[ { "english": "Eggplants always grow best under warm conditions.", "luganda": "Bbiringanya lubeerera asinga kukulira mu mbeera ya bugumu" }, { "english": "Farmland is sometimes a challenge to farmers.", "luganda": "Ettaka ly'okulimirako n'okulundirako ebiseera ebimu kisoomooza abalimi" }, { "english": "Farmers should be encouraged to grow more coffee.", "luganda": "Abalimi balina okukubirizibwa okwongera okulima emmwanyi" }, { "english": "Uganda is focusing on farming.", "luganda": "Uganda essira eritadde ku bulimi." }, { "english": "Some plants die due to lack of sunlight.", "luganda": "Ebimera ebimu bifa olw'ebbula ly'omusana." }, { "english": "Where can we get good resistant varieties that are highly marketable?", "luganda": "Tusobola kuggya wa ebika ebirungi ebigumira embeera yonna bya ttunzi nnyo?" }, { "english": "Cassava stems are always needed for planting.", "luganda": "Emiti gya muwogo lubeerera gyetaagibwa mu kusimba" }, { "english": "The garden has diseased tomato plants.", "luganda": "Ennimiro erimu ennyaanya endwadde" }, { "english": "How do you access market information for sweet potatoes?", "luganda": "Ofuna otya obubaka ku kataale ka lumonde?" }, { "english": "The radio station has given us a platform to sell our vegetables.", "luganda": "Laadiyo etuwadde akadaala okutunda enva endiirwa zaffe" }, { "english": "Mobile phones have enabled me to get pesticide information for beans.", "luganda": "Essimu zinnyambyeko okufuna obubaka ku ddagala ly'ebijanjaalo" }, { "english": "Last month I needed passion fruit information.", "luganda": "Omwezi oguwedde nayagala obubaka ku butunda" }, { "english": "Market information for bananas should be given to all farmers.", "luganda": "Obubaka ku katale k'amatooke bulina okuweebwa abalimi bonna" }, { "english": "Farmers need information on companies that have good seedlings for tomatoes.", "luganda": "Abalimi beetaaga obubaka ku makampuni agalina ensigo y'ennyaanya ennungi" }, { "english": "Some of the shops where farmers can get fertilizers and good planting materials.", "luganda": "Amaduuka agamu abalimi gye basobola okufuna ebigimusa n'ebikozesebwa ebirungi mu kusimba" }, { "english": "Farming programs on radio provide information on how to access cassava planting materials.", "luganda": "Pulogulaamu z'obulimi ku laadiyo ziwa obubaka ku ngeri y'okufunamu ebikozesebwa mu kusimba muwogo." }, { "english": "There are several cassava varieties that can grow in that area.", "luganda": "Waliwo ebika bya muwogo eby'enjawulo ebisobola okudda mu kifo ekyo" }, { "english": "When farmers get information about disease outbreaks early it helps them to plan better.", "luganda": "Abalimi bwe bamanyisibwa amangu ku kubalukawo kw'obulwadde kibayambako okweteekateeka obulungi" }, { "english": "Farmers can benefit a lot from advice on disease control.", "luganda": "Abalimi basobola okugasibwa ennyo okuva mu kuwabulwa ku kutangira obulwadde" }, { "english": "Every Monday farmers are given advice on coffee growing.", "luganda": "Buli Mande abalimi bawabulwa ku nnima y'emmwanyi" }, { "english": "Farmers need weather advice to help them plan better.", "luganda": "Abalimi beetaaga amagezi ku mbeera y'obudde okubayambako okuteekateeka obulungi" }, { "english": "The ministry has provided advice to farmers on how to plant cassava.", "luganda": "Minisitule ewadde abalimi amagezi ku nsimba ya muwogo." }, { "english": "There are a number of wealth creation programs around agriculture.", "luganda": "Waliwo pulogulaamu nnyingi ez'okweggya mu bwavu ezeetooloorera ku byobulimi n'obulunzi." }, { "english": "It is advisable for everyone in the district to have a garden.", "luganda": "Kikubirizibwa buli muntu mu disitulikiti okubeera n'ennimiro" }, { "english": "Some of the important practices in agriculture: spacing weeding pest and disease control.", "luganda": "Ebimu ku bikolebwa eby'omugaso mu bulimi: okuwa amabanga okukoola n'okutangira ebiwuka n'obulwadde." }, { "english": "Farmers are given a platform to ask any agricultural related questions.", "luganda": "Abalimi baweebwa omwagaanya okubuuza ekibuuzo kyonna ekikwata ku byobulimi n'obulunzi." }, { "english": "Farmers are advised to grow crop varieties with high demand.", "luganda": "Abalimi baweereddwa amagezi okulima ebika by'ebirime eby'enjawulo ebyetaagibwa ennyo." }, { "english": "There are several recommendable pesticides when spraying beans.", "luganda": "Waliwo eddagala ery'enjawulo erisembebwa ng'okufuuyira ebijanjaalo." }, { "english": "Agriculture has a lot of benefits for smallholder farmers.", "luganda": "Obulimi n'obulunzi burina emiganyulo mingi kubalimi balimira n'okulundira awafunda." }, { "english": "The production of different crop varieties is what will help that man.", "luganda": "Okulima ebirime eby'enjawulo kye kijja okuyamba omusajja oyo." }, { "english": "We acquire information on how to store our produce from radio broadcasts.", "luganda": "Tufuna obubaka ku ntereka y'ebyo bye tukungudde okuva ku biweerezebwa ku laadiyo." }, { "english": "They get information on good crop agronomy and post-harvest practices.", "luganda": "Bafuna obubaka ku budde bw'okusimba enkozesa y'ebimera ennungi n'ebiddiria oluvannyuma lw'amakungula." }, { "english": "Information on how to grow citrus fruits and vegetables is very useful for farmers.", "luganda": "Obubaka ku nnima y'ekibala kya citrus n'enva endiirwa bwa mugaso nnyo eri abalimi." }, { "english": "Information on weather forecasts and preparation of the garden for planting.", "luganda": "Obubaka ku nteebereza y'obudde n'okuteeketeeka ennimiro okusimba." }, { "english": "Some radio discussions highlight the good markets for farmers' produce.", "luganda": "Okukubaganya ebirowoozo okumu ku laadiyo kusonga ku butale bw'ebirime by'abalimi obulungi." }, { "english": "Farming programs aired on radio help farmers to know the good planting seasons.", "luganda": "Pulogulaamu z'ebyobulimi eziweerezebwa ku laadiyo ziyamba balimi okumanya sizoni ennungi ez'okusimbiramu." }, { "english": "Farmers gain knowledge on planting good seeds and the diseases affecting their crops.", "luganda": "Abalimi bafuna amagezi ku kusimba ensigo ennungi n'endwadde ezikosa ebirime byabwe." }, { "english": "Certain organisations provide information to farmers on crop inputs and varieties via radio.", "luganda": "Ebitongole ebimu biwa abalimi obubaka ku nsigo n'ebika eby'enjawulo okuyita ku laadiyo." }, { "english": "The birds have eaten all the maize cobs in that woman's garden.", "luganda": "Ebinyonyi biridde ebikongoliro bya kasooli byonna mu nnimiro y'omukazi." }, { "english": "This yellow leaf with a purple base is diseased.", "luganda": "Ekikoola ekya kyenvu kino n'ekolo ekya kakobe kirwadde." }, { "english": "The leaf has yellow linings and rust in the middle.", "luganda": "Ekikoola kirina obukuubo obwa kyenvu n'okumyukirira mu makkati." }, { "english": "Maize leaf rust causes the tip of a leaf to dry.", "luganda": "Okumyukirira kw'ebikoola bya kasooli kireetera akasongezo k'ekikoola okukala." }, { "english": "Some of the diseased leaves have dried up.", "luganda": "Ebimu ku bikoola ebirwadde bikaze." }, { "english": "Some of the yellow leaves on this plant are folded on one side.", "luganda": "Ebimu ku bikoola ebya kyenvu ku kimera kino byefunyizza ku luuyi lumu." }, { "english": "One of the symptoms of maize leaf rust and maize blight is yellowing leaves.", "luganda": "Akamu ku bubonero bwa maize leaf rust ne maize blight bye bikoola okufuuka ebya kyenvu." }, { "english": "The maize leaf is yellow however its colour tends to brown at the base.", "luganda": "Ekikoola kya kasooli kya kyenvu wabula langi yaakyo etera okuba eya kitaka wansi." }, { "english": "The patches on the leaves is not a good sign for the crop.", "luganda": "Obubalabala ku bikoola si kabonero kalungi ku birime." }, { "english": "The top part of the maize plant has been eaten by these loitering goats.", "luganda": "Ekitundu kya kasoolo ekya waggulu kiriiriddwa embuzi zino ezitaayaaya." }, { "english": "Termites have become a very big issue in this garden.", "luganda": "Enkuyege zifuuse ensonga ennene ennyo mu nnimiro eno." }, { "english": "Weeding is a good farming practice that everyone should know about.", "luganda": "Okukoola kikolwa ky'okulima ekirungi buli omu kyalina okumanyaako." }, { "english": "The sorghum is good and healthy and this will give us better yields.", "luganda": "Omuwemba mulamu bulungi era kino kijja kutuwa amakungula amalungi." }, { "english": "I think this plant is diseased because all its leaves are yellow.", "luganda": "Ndowooza ekimera kino kirwadde kubanga ebikoola byakyo byonna bya kyenvu." }, { "english": "We are most likely to have no yield from this plant.", "luganda": "Tuyinza butakungula mu kimera kino." }, { "english": "Some of the groundnut plants have been eaten by termites.", "luganda": "Ebimu ku bikolo by'ebinyeebwa biriiriddwa enkuyege." }, { "english": "Brown spots in the middle part of the affected leaves.", "luganda": "Amabala ga kitaka mu kitundu ky'omu makkati g'ebikoola ebirwadde." }, { "english": "The affected leaf might have been due to bad weather.", "luganda": "Ekikoola ekyonoonese kiyinza kuba nga kivudde ku mbeera y'obudde mbi." }, { "english": "The animals that loiter through the garden have damaged all the crops.", "luganda": "Ensolo ezitaayaayiza mu nnimiro zoonoonye ebirime byonna mu nnimiro." }, { "english": "These diseased leaves are drying because they are being suppressed by the weeds.", "luganda": "Ebikoola bino ebirwadde bikala kubanga bitataaganyizibwa omuddo." }, { "english": "The poor banana yields are as a result of maize leaf rust.", "luganda": "Amakungula g'amatooke amabi gavudde ku maize leaf rust." }, { "english": "Stunted growth of the bananas is a result of weeds in the garden.", "luganda": "Okukonziba kw'amatooke kuva ku muddo mu nnimiro." }, { "english": "This damaged plant might have been eaten by the Fall armyworm.", "luganda": "Ekimera kino ekyonoonese kiyinza okuba nga kyaliiriddwa akasaanyi ka armyworm." }, { "english": "The garden needs to be weeded because it is in a bushy environment.", "luganda": "Ennimiro yeetaaga okukoolebwa kubanga ezise." }, { "english": "The top shoot has been eaten by the Fall armyworm.", "luganda": "Ekitundu kya waggulu kiriiriddwa akasaanyi ka armyworm." }, { "english": "The maize is in a bushy garden and it has leaf rust.", "luganda": "Kasooli ali mu nnimiro ezise era alina n'ebikoola ebimyukiridde." }, { "english": "The potato plant has both purple stripes and brown spots on the leaves.", "luganda": "Lumonde alina ebikuubo ebya kakobe n'amabala aga kitaka ku bikoola." }, { "english": "This plant has yellow leaves with brown spots between the veins.", "luganda": "Ekimera kino kirina ebikoola ebya kyenvu n'amabala aga kitaka mu bukuubo obutambuza amazzi." }, { "english": "The tomato leaves are yellow and dry.", "luganda": "Ebikoola by'ennyaanya bya kyenvu era bikalu." }, { "english": "The leaves have pods because of the pests.", "luganda": "Ebikoola birwadde olw'ebiwuka." }, { "english": "Normally the white spots on the maize leaves are brought about by the pests.", "luganda": "Bulijjo amabala ameeru ku bikoola bya kasooli galeetebwa biwuka." }, { "english": "The maize leaves have been eaten by caterpillars.", "luganda": "Ebikoola bya kasooli biriiriddwa ebisaanyi." }, { "english": "The white spots on the Maize leaves are as a result of the Fall armyworm.", "luganda": "Amabala ameeru ku bikoola bya kasooli galeeteddwa akasaanyi ka armyworm." }, { "english": "The cassava leaves have yellow stripes at the base.", "luganda": "Ebikoola bya muwogo biriko ebikuubo bya kyenvu wansi." }, { "english": "One of the common deficiencies in orange plants is yellowing of the leaf tips.", "luganda": "Obumu ku bulwadde obusinga mu micungwa bwe busongezo bw'ebikoola okufuuka kyenvu." }, { "english": "The maize leaves are full of holes because they are being eaten by pests.", "luganda": "Ebikoola bya kasooli bijjudde ebituli kubanga biriibwa obuwuka." }, { "english": "A farmer in Bukujju village showed us some of the diseased plants in his garden.", "luganda": "Omulimi ku kyalo ky'e Bukujju yatulaze ebimu ku bimera ebirwadde mu nnimiro ye." }, { "english": "In Kayunga district most of the gardens have diseased maize plantations.", "luganda": "Mu disitulikiti y'e Kayunga ennimiro ezisinga zirimu kasooli omulwadde." }, { "english": "There are very many bean diseased plants in this area.", "luganda": "Waliwo ebijanjaalo bingi nnyo ebikwatiddwa obulwadde mu kitundu kino." }, { "english": "The brown colour on the coffee leaves is as a result of common rust.", "luganda": "Langi ya kitaka ku bikoola by'emwanyi ereeteddwa bulwadde common rust." }, { "english": "Fall Armyworm is feeding on the maize leaf.", "luganda": "Akasaanyi ka armyworm erya ku bikoola bya kasooli." }, { "english": "The presence of weeds in a garden causes the maizes leaves to turn into yellow.", "luganda": "Omuddo okubeera mu nnimiro kireetera ebikoola bya kasooli okufuuka ebya kyenvu." }, { "english": "This maize plant has rust because of the disease.", "luganda": "Kasooli amyukiridde olw'ekirwadde." }, { "english": "The grains of this maize plant are bigger in size which is not normal.", "luganda": "Empeke z'ekikolo kya kasooli kino nnene mu kikula ekitali kya bulijjo." }, { "english": "Maize Streak Disease makes the middle line on the leaf to turn yellow.", "luganda": "Obulwadde bwa maize streak bufuula layini y'omumakkati g'ekikoola okufuuka eya kyenvu." }, { "english": "The goats have eaten the maize in the garden.", "luganda": "Embuzi ziridde kasooli mu nnimiro." }, { "english": "One of the symptoms of a plant affected by maize streak disease is yellow leaves.", "luganda": "Akamu ku bubonero bw'ekimera ekirumbiddwa obulwadde bwa maize streak bye bikoola ebya kyenvu." }, { "english": "The maize leaf has been eaten as a result of fall armyworm.", "luganda": "Ekikoola kya kasooli kiriiriddwa oluvannyuma lw'okulumbibwa akasaanyi ka armyworm." }, { "english": "This plant has been affected by the maize disease because the leaf has a grey colour.", "luganda": "Ekimera kino kikwatiddwa obulwadde bwa kasooli kubanga ekikoola kirina langi ya kivuuvu" }, { "english": "Maize has been affected by the Fall Army Worm.", "luganda": "Kasooli akwatiddwa akasaanyi ka armyworm." }, { "english": "The leaves of the plant have been affected by the disease.", "luganda": "Ebikoola by'ekimera bikwatiddwa obulwadde." }, { "english": "People with small lands can practice farming to earn a living.", "luganda": "Abantu abalina ettaka ettono basobola okulima okufuna ssente." }, { "english": "The government encourages people to use good planting materials to get better yields.", "luganda": "Gavumenti ekubiriza abantu okukozesa ensigo ennungi okufuna amakungula amalungi." }, { "english": "Farmers have no market for maize.", "luganda": "Abalimi tebalina katale ka kasooli." }, { "english": "You can increase your harvest in the following ways.", "luganda": "Osobola okwongera ku makungula go mu ngeri zino." }, { "english": "Beekeeping generates food and income.", "luganda": "Okulunda enjuki kuvaamu emmere ne ssente." }, { "english": "The demand for rabbits has been increasing in recent days.", "luganda": "Obwetaavu bw'obumyu buzze bweyongera mu nnaku eziyise." }, { "english": "Farmers in Uganda face a lot of challenges associated with crop diseases and the weather.", "luganda": "Abalimi mu Uganda basanga okusoomozeebwa kungi nnyo okwekuusa ku bulwadde bw'ebimera n'embeera y'obudde." }, { "english": "An expert in agriculture and nutrition dominated the food awards.", "luganda": "Omukugu mu bulimi n'endya yeefuze awaadi z'emmere." }, { "english": "Late spraying is the reason why the food we have now days is contaminated.", "luganda": "Okulwawo okufuuyira y'ensonga lwaki emmere gye tulina ennaku zino eyonoonese." }, { "english": "Can debt cancellation revive the economy?", "luganda": "Okusazaamu ebbanja kisobola okuddaabulula ebyenfuna?" }, { "english": "Be cautious about how you spend your finances.", "luganda": "Beera mwegendereza ku ngeri gy'osaasaanyaamu ssente zo." }, { "english": "Exhibitions are one way of marketing a new product.", "luganda": "Emyoleso emu ku ngeri y'okulangamu ekyamaguzi ekipya." }, { "english": "Leasing is also one way of putting to use idle assets.", "luganda": "Okwazika nayo emu ku ngeri y'okukozesaamu ebintu ebibadde bitakozesebwa." }, { "english": "There are quite many investment opportunities in the private sector.", "luganda": "Waliwo emikisa mingi egy'okusiga ensimbi mu bintu ebiyamba abantu ba bulijjo." }, { "english": "Majority of the banks offer loans.", "luganda": "Bbanka ezisinga obungi zigaba zi looni." }, { "english": "Schools now days focus on training students on how to run business.", "luganda": "Amasomero ennaku zino essira galitadde ku kutendeka bayizi ngeri z'okuddukanyaamu bizinensi." }, { "english": "Setting up industries can help to create jobs for many people Ugandans.", "luganda": "Okutandikawo amakolero kisobola okuyamba okutonderewo bannayuganda bangi emirimu." }, { "english": "It will take a while for the country's economy to go back where it was.", "luganda": "Kijja kutwala akabanga ebyenfuna by'eggwanga okuddayo we byali." }, { "english": "The government now wants to examine all the transaction books of various companies.", "luganda": "Gavumenti kati eyagala kwekaliriza ebitabo bya kkampuni ez'enjawulo mwe zikolera bizinensi." }, { "english": "Increasing the prices of goods can either make you profits or loses.", "luganda": "Okwongeza emiwendo gy'ebintu kisobola okukukolera amagoba oba okufiirwa." }, { "english": "Pineapple farmers want industries where they can change their fruits into other products.", "luganda": "Abalimi b'ennaanansi baagala amakolero gye basobola okukyusiza ebibala byabwe okufuuka ebyamaguzi ebirala." }, { "english": "Experts say that business owners need to be knowledgeable in order to be successful.", "luganda": "Abakugu bagamba nti bannanyini bizinensi beetaaga okuba n'amagezi okusobola okuwangula." }, { "english": "Banks take people's property by force especially on failure to clear the loan.", "luganda": "Bbanka zitwala ebintu by'abantu ku mpaka naddala nga balemereddwa okusasula looni." }, { "english": "Using mobile money to buy and sell goods has increased in the first half of this year.", "luganda": "Okukozesa mobile money okugula n'okutunda ebyamaguzi kyeyongedde nnyo mu kitundu ky'omwaka guno ekisoose." }, { "english": "You should learn how to transform your business after the lockdown.", "luganda": "Olina okuyiga engeri y'okukulaakulanyaamu bizinensi yo oluvannyuma lw'omuggalo." }, { "english": "Ugandan advises citizens to use money given to them to start businesses.", "luganda": "Munnayuganda awa abatuuze amagezi okukozesa mobile money okutandikawo zi bizinensi" }, { "english": "A big supermarket is closing all its branches.", "luganda": "Ssemaduuka ennene eri mu kuggalawo amatabi gaayo gonna." }, { "english": "The airport has been opened again for business.", "luganda": "Ekisaawe ky'ennyonyi kizzeemu okuggulwawo eri bizinensi." }, { "english": "The estate manager has been given two days to clear all his debtors.", "luganda": "Omukulaakulanya w'ettaka aweereddwa ennaku bbiri okusasula amabanja ge gonna." }, { "english": "Oil exports will bring in a lot of money for the country.", "luganda": "Okutunda amafuta ebweru w'eggwanga kijja kuleeta ssente mu ggwanga." }, { "english": "Financial institutions have to pay bonuses to people.", "luganda": "Ebitongole by'ensimbi birina okusasula abantu obusiimo." }, { "english": "It is always good to determine the resale value of a used car.", "luganda": "Bulijjo kirungi okumanya omuwendo gw'emmotoka ekozeeko." }, { "english": "Three banks have closed due to the pandemic.", "luganda": "Bbanka ssatu ziggaddwawo lw'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "I think they will retain the award come next year.", "luganda": "Ndowooza bajja kusigaza awaadi n'omwaka ogujja." }, { "english": "It is very vital for media firms to have talented journalists.", "luganda": "Kikulu nnyo emikutu gya ffirimu okubeera ne bannamawulire ab'ebitone." }, { "english": "That television station currently has the best investigative reporters in the media arena.", "luganda": "Terefayina eyo mu kiseera kino y'erina bannamawulire abanoonyerza abasinga mu kisaawe ky'eby'amawulire." }, { "english": "How will Ugandan business owners benefit from digital tax?", "luganda": "Bannanyini bizinensi mu Uganda banaaganyulwa batya mu musolo gw'okumutimbagano?" }, { "english": "She said that so far they have received one hundred nineteen million shillings from the bank.", "luganda": "Yagambye nti baakafunawo obukadde kikumi kkumi na mwenda okuva mu bbanka." }, { "english": "Maybe the oil prices will finally go down next month.", "luganda": "Osanga ebbeeyi y'amafuta oluvannyuma enakka omwaka ogujja." }, { "english": "Business owners in Uganda opt for online marketing to contain pandemic challenges.", "luganda": "Bannannyini bizinensi mu Uganda baasazeewo okulangira ku mutimbagano okuvvuunuka okusoomoozebwa kw'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "Uganda's economy will grow once it starts extracting its oil in Western Uganda.", "luganda": "Ebyenfuna bya Uganda bijja kukula bw'enaatandika okusima amafuta gaayo mu bugwanjuba bwa Uganda." }, { "english": "Business owners need to find new ways of doing business during these days of quarantine.", "luganda": "Bannannyini bizinensi beetaaga okunoonya engeri empya ez'okukolamu businensi mu nnaku za kkalantiini zino." }, { "english": "Ugandan businessmen should think of exporting beef to South Sudan", "luganda": "Abasuubuzi bannayuganda balina okulowooza ku kutunda ennyama y'ente e South Sudan." }, { "english": "Ankole clans make celebrations for their first annual harvest.", "luganda": "Ebika bya Ankole bijaguza olw'amakungula gaabyo agasooka mu mwaka." }, { "english": "Makerere University performs well in the African region.", "luganda": "Ssettendekero ya Makerere ekola bulungi ku ssemazinga wa Africa." }, { "english": "Uganda supports female scientist.", "luganda": "Uganda ewagira bannassaayansi abakyala." }, { "english": "Schools ought to fund their activities.", "luganda": "Amasomero gateekeddwa okuteeka ensimbi mu mirimu gyago." }, { "english": "The reopening of universities has brought confusion amongst the students.", "luganda": "Okuggulawo zi ssettendekero kureeseewo okuzaabuzibwa mu bayizi." }, { "english": "Candidates are expected to go back to school soon.", "luganda": "Abayizi abali mu mwaka ogw'akamalirizo basuubirwa okudda ku masomero mu bwangu." }, { "english": "The Uganda Examination Board are yet to decide when students will sit their exams.", "luganda": "Uganda Examination Boarde naatera okusalawo ddi abayizi lwe banaatuula ebibuuzo byabwe." }, { "english": "The government says there is no money to help people to study online.", "luganda": "Gavumenti egamba nti tewali ssente za kuyamba bantu kusomera ku mutimbagano." }, { "english": "Schools should not increase school fees.", "luganda": "Amasomero tegalina kwongeza bisale." }, { "english": "There are many newly established government schools this year.", "luganda": "Amasomero ga gavumenti amapya mangi agazimbiddwa omwaka guno." }, { "english": "The school headteacher has been arrested for beating the underage girls.", "luganda": "Omukulu w'essomero akwatiddwa olw'okukuba abawala abatanneetuuka." }, { "english": "The ministry of education notified schools of the revised exam time table.", "luganda": "Minisitule y'ebyenjigiriza yategeeza amasomero ku nkyukakyuka mu budde ebibuuzo kwe binaakolebwamu." }, { "english": "Do u think this academic year should be cancelled?", "luganda": "Olowooza omwaka gw'ebyensoma guno gulina okusazibwamu?" }, { "english": "The government refuses to comment on when educational institutions would resume.", "luganda": "Gavumenti egaana okwogera ku ddi amatendekero lwe ganaggulawo." }, { "english": "It is always important for the ministry of education to oversee all school issues.", "luganda": "Bulijjo kya mugaso minisitule y'ebyenjigiriza okulondoola ensonga z'amasomero zonna." }, { "english": "The government has allowed educational institutions to open up for final year students.", "luganda": "Gavumenti ekkirizza amatendekero okuggulirawo abayizi abali mu mwaka ogw'akamalirizo." }, { "english": "Educational institutions are to be changed into treatment points.", "luganda": "Amatendekero gaakufuulibwamu ebifo ebijjanjabirwamu." }, { "english": "Every student is awaiting the date when schools will eventually resume.", "luganda": "Buli muyizi alindirira ennaku z'omwezi amasomero lwe galiddamu okuggulawo." }, { "english": "Why are some school girls opting for abortion instead of keeping the pregnancy?", "luganda": "Lwaki abawala abamu abasoma basalawo okuggyamu embuto mu kifo ky'okuzikuza?" }, { "english": "Drama is very fun.", "luganda": "Katemba anyuma nnyo." }, { "english": "Wedding ceremonies are not for the rich only.", "luganda": "Emikolo gy'embaga si gya bagagga bokka." }, { "english": "What are the benefits of music nominations?", "luganda": "Miganyulo ki egiri mu kusunsulwa kw'okuyimba?" }, { "english": "Ceremonies are part of life.", "luganda": "Emikolo kitundu ku bulamu." }, { "english": "Reality television shows usually come to an end unexpectedly.", "luganda": "Pulogulaamu za ttivi eziraga embeera abantu gye bayitamu ziggwa mu ngeri gy'otasuubira." }, { "english": "How was the comedy show?", "luganda": "Ekivvulu kya bakazanyiikirizi kyabadde kitya?" }, { "english": "We have lost many talented artists over the years.", "luganda": "Tufiiriddwa bannabitone bangi emyaka egyetoolodde." }, { "english": "It is my goal to be the leading movie actor.", "luganda": "Kiruubirirwa kyange okubeera omuzannyi wa ffirimu asinga." }, { "english": "The International dance event will be broadcasted live on television in September.", "luganda": "Ekivvulu ky'amazina eky'ensi yonna kijja kulagibwa butereevu ku terefayina mu gwomwenda." }, { "english": "Musicians have been denied permission to stage a show in Kampala.", "luganda": "Abayimbi bammiddwa olukusa okutegeka ekivvulu mu Kampala." }, { "english": "We should make laws that can assist in fighting defilers.", "luganda": "Tulina okubaga amateeka agasobola okutuyamba okulwanyisa abakabasanya abaana." }, { "english": "Nearly ten thousand girls were defiled between January and June.", "luganda": "Kumpi abawala mutwalo baasobozebwako wakati wa Gatonnya ne Ssebaaseka." }, { "english": "Not all coronavirus test results come back accurately and in time.", "luganda": "Si buli ebiva mu kukebera akawuka ka ssennyiga kolona nti bikomawo nga bituufu era mu budde." }, { "english": "Coronavirus test kits are being questioned by the public.", "luganda": "Kiiti ezikebera akawuka ka ssennyiga kolona zitankanibwa abantu." }, { "english": "The task force has also been tasked to review the status of the remaining sector.", "luganda": "Akakiiko akadduukirize kaweereddwa omulimu okwekenneenya y'abantu abasigaddewo." }, { "english": "Diseases spread and can also lead to deaths.", "luganda": "Endwadde zisaasaana era zisobola okuviirako okufa." }, { "english": "Health check-ups are a necessity.", "luganda": "Okukeberwa endwadde kyetaago." }, { "english": "The whole world is in a pandemic.", "luganda": "Ensi yonna eri mu kirwadde bbunansi." }, { "english": "Pandemic diseases often spread faster and may most likely lead to deaths.", "luganda": "Endwadde bbunansi zitera okusaasaana amangu era ebiseera ebisinga ziyinza okuviirako okufa." }, { "english": "What is the meaning of cholesterol?", "luganda": "Kolesitulo kitegeeza ki?" }, { "english": "It is very possible for every woman to conceive naturally.", "luganda": "Kisobokera ddala buli mukazi okufuna olubuto mu mbeera ya bulijjo." }, { "english": "Exercises are very good for maintaining a healthy body.", "luganda": "Dduyiro mulungi nnyo mu kukuuma omubiri nga mulamu." }, { "english": "Milk has lots of health benefits.", "luganda": "Amata galimu emiganyulo gy'ebyobulamu mingi." }, { "english": "Expand medical treatment units where necessary.", "luganda": "Gaziya ebifo awajjanjabirwa we kyetaagisiza." }, { "english": "Medical professionals also need to be appreciated for their good work.", "luganda": "Abakugu mu byobulamu nabo beetaaga okusiimibwa olw'omulimu gwabwe omulungi." }, { "english": "Coronavirus deaths are increasing in Uganda.", "luganda": "Abafa akawuka ka ssennyiga kolona beeyongera mu Uganda." }, { "english": "During the coronavirus outbreak people began making masks out of clothes.", "luganda": "Mu kubalukawo kw'akawuka ka sennyiga kolona abantu baatandika okukola masiki mu ngoye." }, { "english": "Coronavirus infections keep on increasing but also some people are recovering from the virus.", "luganda": "Abalwala akawuka ka ssennyiga kolona beeyongera naye era abantu abamu bawona akawuka." }, { "english": "There is still no coronavirus vaccine.", "luganda": "Tewannabaawo ddagala ligema kawuka ka ssennyiga kolona" }, { "english": "Hospital workers go on strike over delayed salary payments.", "luganda": "Abasawo b'eddwaliro beediima olw'okulwawo okusasulwa omusaala." }, { "english": "Men have been affected by coronavirus more than women.", "luganda": "Abasajja bakoseddwa akawuka ka ssennyiga kolona okusinga abakyala." }, { "english": "coronavirus deaths are nearing to a million.", "luganda": "Abaakafa akawuka ka ssennyiga kolona bakunukkiriza akakadde." }, { "english": "The Police post in kawempe closes after one arrested person was found with coronavirus.", "luganda": "Poliisi y'e Kawempe eggaddwawo oluvannyuma lw'omu ku bakwate okuzuulibwa n'akawuka ka ssennyiga kolona." }, { "english": "Research says that the coronavirus can attack the human brain.", "luganda": "Okunoonyereza kulaga nti akawuka ka ssennyiga kolona kasobola okukwata obwongo bw'omuntu." }, { "english": "Coronavirus has no cure or vaccine of late.", "luganda": "Akawuka ka sennyiga kolona tekannafuna ddagala likawonya oba okukagemebwa mu kaseera kano." }, { "english": "if you want to be healthy drink milk daily.", "luganda": "Bw'oba oyagala okubeera omulamu nywa amata buli lunaku." }, { "english": "We want to know if social distancing exists.", "luganda": "Twagala okumanya oba okwewa amabanga weekuli." }, { "english": "Health workers were appreciated for the good work done.", "luganda": "Abasawo baasiimiddwa olw'omulimu omulungi ogukoleddwa." }, { "english": "There are more cases from samples collected at the entry points of the country.", "luganda": "Waliwo abalwadde abalala okuva mu sampolo ezaakungaanyiziddwa ku bifo by'eggwanga ewayingirirwa." }, { "english": "There will be a daily release of coronavirus results by the Ministry of Health.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu ejja kufulumyanga ebivudde mu kukebera akawuka ka kolona buli lunaku." }, { "english": "There are more coronavirus cases in the truck drivers.", "luganda": "Waliwo abavuzi ba biroole abalala abazuuliddwamu akawuka ka kolona." }, { "english": "Some patients have not fully recovered from the sickness.", "luganda": "Abalwadde abamu tebannawonera ddala okuva mu bulwadde." }, { "english": "Truck drivers from neighbouring countries contribute the highest number of coronavirus cases in Uganda.", "luganda": "Abavuzi ba birooole okuva mu nsi ezitwetoolodde bongezza omuwendo gw'abalwadde bw'akawuka kolona mu Uganda." }, { "english": "What are the signs and symptoms of coronavirus?", "luganda": "Akawuka ka kolona kalina bubonero ki?" }, { "english": "Frontline health workers have joined the number of individuals who have contracted coronavirus.", "luganda": "Abasawo abali ku mwaanjo beegasse ku bannayuganda akawatiddwa akawuka ka kolona.." }, { "english": "The samples for the contacts were taken for testing.", "luganda": "Sampolo z'abo abaaliko n'abalwadde zaatwalibwa okukeberebwa." }, { "english": "Thanks should be extended to health workers in the Northern region.", "luganda": "Okwebaza kugende eri abasawo mu kitundu ky'obukiikakkono." }, { "english": "The amount of money required to take a coronavirus test will be communicated.", "luganda": "Omuwendo gw'ensimbi ogwetaagisa okukebera akawuka ka kolona gujja kwogerebwa." }, { "english": "There is a delay in releasing results for the samples that were tested.", "luganda": "Waliwo okulwawo mu kufulumya ebyava mu samopolo ezaakeberebwa." }, { "english": "All tests from the eleven foreigners turned out to be positive.", "luganda": "Byonna ebyakweberebwa ku bagwira ekkumi n'omu byazuuliddwamu akawuka." }, { "english": "Truck drivers who tested positive for coronavirus were taken back to their home countries.", "luganda": "Abavuzi ba biroole abaazuuliddwamu akawuka ka kolona baddiziddwayo mu nsi zaabwe." }, { "english": "More coronavirus patients were realised after testing in June.", "luganda": "Abalwadde b'akawuka ka kolona abalala baazuulibwa oluvannyuma lw'okukeberebwa mu gw'omukaaga." }, { "english": "Samples were taken from their immediate contacts and also from the health workers.", "luganda": "Sampolo zaggyibwa ku bantu be baali baakabaako nabo n'okuva ku basawo." }, { "english": "People were advised to wear a mask while in public.", "luganda": "Abantu baaweebwa amagezi okwambala obukookolo nga bali mu bifo eby'olukale." }, { "english": "The coronavirus test is very expensive.", "luganda": "Okukebererwa kw'akawuka ka kolona kwa buseere nnyo." }, { "english": "The government offered to distribute masks to all Ugandans countrywide.", "luganda": "Gavumenti yeewaayo okugabira bannayuganda bonna obukookolo okwetooloola ggwanga." }, { "english": "A few coronavirus recoveries have been realised.", "luganda": "Abaawonye akawuka ka kolona abatono basiimiddwa." }, { "english": "Patients that tested negative for coronavirus in Gulu have been discharged.", "luganda": "Abalwadde abataazuulibwamu kawuka ka kolona e Gulu basiibuddwa." }, { "english": "Nowadays every private hospital asks for a consultation fee.", "luganda": "Ennaku zino buli ddwaliro ery'obwannannyini lisaba ssente z'okwebuuza." }, { "english": "More coronavirus patients have been confirmed negative twice.", "luganda": "Abalwadde b'akawuka ka kolona abalala bakakasiddwa emirundi ebiri nga tebalina kawuka.." }, { "english": "More truck drivers entering from Mutukula are being diagnosed with coronavirus.", "luganda": "Abavuzi ba biroole abalala abayingirira e Mutukula bakyakeberebwa akawuka ka kolona." }, { "english": "There will be a live update on the coronavirus cases by the minister of Health.", "luganda": "Wajja kubaawo okumanyisibwa ku bipya ku kawuka ka kolona okuva eri minisita w'ebyobulamu." }, { "english": "The public will get daily updates about coronavirus.", "luganda": "Abantu bajja kufuna ebipya ku kawuka ka kolona buli lunaku." }, { "english": "Doctors happily discharged all their patients who had initially tested positive for coronavirus.", "luganda": "Abasawo mu ssanyu baasiibudde abalwadde baabwe bonna abaasooka okuzuulibwamu akawuka ka kolona." }, { "english": "Only one health frontline worker has died.", "luganda": "Omusawo ow'okumwanjo omu yekka ye yaakafa." }, { "english": "There is a continuous rise in the number of people with coronavirus disease.", "luganda": "Waliwo okweyongera mu muwendo gw'abantu abalina obulwadde bw'akawuka ka kolona." }, { "english": "More coronavirus patients have recovered from the disease.", "luganda": "Abalwadde b'akawuka ka kolona abalala bawoye obulwadde." }, { "english": "The sleep under a mosquito net campaign aims at preventing the spread of malaria.", "luganda": "Kaweefube w'okwebaka mu katimba k'ensiri aluubirira kuziyiza okusaasaana kw'omusujja gw'ensiri." }, { "english": "There are more coronavirus recoveries even with the increasing number of infections.", "luganda": "Waliwo bangi abawona akawuka ka kolona wadde nga n'abalwadde beeyongera." }, { "english": "There were more coronavirus samples tested in June.", "luganda": "Waliwo Sampolo z'akawuka ka kolona nnyingi ezaakeberebwa mu mwezi gwomukaaga." }, { "english": "Coronavirus patients who tested negative were discharged from the hospital in Entebbe.", "luganda": "Abalwadde b'akawuka ka kolona abaawonye baasiibulwa okuva mu ddwaliro Entebbe." }, { "english": "Gas cylinders were provided as a donation towards the fight of coronavirus.", "luganda": "Ggaasi siirinda zaaleeteddwa ng'obuyambi mu kulwanyisa akawuka ka kolona." }, { "english": "Samples were taken from individuals having coronavirus symptoms at a research institute.", "luganda": "Sampolo zaggyiddwa ku bantu abalina obubonero bw'akawuka ka kolona ku kkeberero." }, { "english": "The foreign nationals who tested negative for coronavirus will undergo self-isolation.", "luganda": "Bannansi abagwira abataazuulwamu kawuka ka kolona bajja kugenda mu kweyawula." }, { "english": "Do's and Don'ts have been put in place to actively control the spread of coronavirus", "luganda": "Eby'okukola n'ebitalina kukolebwa biteereddwawo okutangira okusaasaana kw'akawuka ka kolona." }, { "english": "Human resource personnel is needed for the upcoming mosquito net campaign.", "luganda": "Omukozi avunaanyizibwa ku nsonga z'abakozi yeetaagibwa ku kampeyini y'okugaba y'obutimba bw'ensiri ejja." }, { "english": "Some journalists will be rewarded for creating awareness on health issues.", "luganda": "Bannamawulire abamu bajja kusiimibwa olw'okumanyisa ku byobulamu." }, { "english": "Ambulances and firefighting equipment have been donated to the government.", "luganda": "Emmotoka ezitambuza abalwadde abayi n'ebyuma ebizikiza omuliro biweereddwa gavumenti." }, { "english": "Handkerchiefs should either be washed well as a measure to prevent the spread of coronavirus.", "luganda": "Obutambaala bulina okwozebwa obulungi ng'engeri y'okutangira ensaasaana y'akawuka ka kolona." }, { "english": "An unborn baby can get hepatitis from its infected mother.", "luganda": "Omwana atanazaalibwa asobola okufuna obulwadde bw'ekibumba okuva ku maama we abulina." }, { "english": "Alcohol-based sanitizers can be used to reduce coronavirus infections.", "luganda": "Sanitayiza ezirimu omwenge zisobola okukozesebwa okukendeeza okukwatibwa kw'akawuka ka kolona." }, { "english": "Staying home when having flu-like symptoms can be a preventive measure against coronavirus.", "luganda": "Okusigala awaka ng'olina obubonero obwefaanaanyiriza ssennyiga esobola okubeera engeri y'okuziyiza akawuka ka kolona." }, { "english": "The health task force is appreciated for its tireless work towards saving lives.", "luganda": "Akakiiko k'ebyobulamu akadduukirize kasiimibwa olw'okola n'obutaweera okutaasa obulamu." }, { "english": "Hospitals are advised to start record digitalization for better management.", "luganda": "Amalwaliro gaweebwa amagezi okutandika okukuumiro ebiwandiiko mu kompyuta okusobola okuddukanyizibwa obulungi." }, { "english": "There is ongoing health supervision in every district.", "luganda": "Waliwo okulambula kw'ebyobulamu okugenda mu maaso mu buli disitulikiti." }, { "english": "Free mosquito nets will be distributed countrywide by the government of Uganda.", "luganda": "Gavumenti ya Uganda ejja kugaba obutimba bw'ensiri obw'obwereere mu ggwanga lyonna ." }, { "english": "The Ministry of Health has put in place guidelines for safe mass gatherings.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu etaddewo ennambika ku nkungaana z'abantu ennungi." }, { "english": "The Ministry of Health issued coronavirus self-quarantine guidelines.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu yayisizza ennambika ku kweyawula kw'akawuka ka kolona." }, { "english": "The general public has been informed of the upcoming sickle cell campaign.", "luganda": "Abantu bonna bategeezeddwa ku kampeyini y'obulwadde bwa nnalubiri ejja." }, { "english": "All schools should follow health guidelines on mass gatherings.", "luganda": "Amasomero gonna galina okugoberera ennambika y'ebyobulamu ku nkungaana z'abantu." }, { "english": "A minister advised that schools remain open.", "luganda": "Minisita yawabudde nti amasomero gasigale nga maggule." }, { "english": "The Ministry of Health needs more equipment to enhance Uganda's preparedness on coronavirus.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu yetaaga ebikozesebwa ebirala okwongera ku kwetegeka kwa Uganda ku kawuka ka kolona." }, { "english": "An unknown resident of Kampala was put under mandatory self-quarantine.", "luganda": "Omutuuze w'e Kampala atanategeerekeka yateekeddwa mu kwe yawula okw'obuwaze." }, { "english": "The coronavirus toll-free lines were provided by the Ministry of Health.", "luganda": "Ennamba z'essimu ez'obwereere zaateereddwawo minisitule y'ebyobulamu." }, { "english": "We need a public demonstration of how the coronavirus screening process is done.", "luganda": "Twetaaga omwoleso ogw'olukale ku ngeri akawuka ka kolona gye kakeberebwamu." }, { "english": "Please avoid gatherings and public places during these pandemic times.", "luganda": "Bambi mwewale enkungaana n'ebifo by'olukale mu biseera bino eby'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "The public has been urged to avoid handshaking and hugging at all times.", "luganda": "Abantu basabiddwa okwewala okwekwata mu ngalo n'okwegwa mu kifuba obudde bwonna." }, { "english": "Those who showed signs and symptoms of coronavirus have tested negative.", "luganda": "Abaalaze obubonero obw'akawuka ka kolona tebazuuliddwamu bulwadde." }, { "english": "The coronavirus toll-free line has been restored and issues have been rectified.", "luganda": "Essiimu y'obwereere ku kawuka ka kolona ezziddwako era ensonga zitereezeddwa." }, { "english": "All travellers are being screened for coronavirus at the border points.", "luganda": "Abasaabaze bonna bakeberebwa akawuka ka kolona ku nsalo." }, { "english": "The permanent secretary will be live on television tonight.", "luganda": "Omuwandiisi ow'enkalakalira ajja kubeera butereevu ku terefayina ekiro." }, { "english": "A suspected coronavirus case from Masaka region has turned out to be negative.", "luganda": "Ateeberezebwa okuba n'akawuka ka kolona okuva mu kitundu ky'e Masaka tazuuliddwamu kawuka." }, { "english": "The ministry of health has not yet confirmed any coronavirus case in Uganda.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu tennakakasayo mulwadde w'akawuka ka kolona yenna mu Uganda." }, { "english": "Wash hands with soap and water to prevent the spread of coronavirus.", "luganda": "Naaba mu ngalo ne sabbuuni okutangira okusaasaanya akawuka ka korona." }, { "english": "The president will address the nation today to provide further guidance on coronavirus.", "luganda": "Pulezidenti ajja kwogerako eri eggwanga leero okwongera okulambika ku kawuka ka kolona." }, { "english": "Blood samples are run three times to confirm the coronavirus negative result.", "luganda": "Sampolo z'omusaayi zikeberebwa emirundi esatu okukakasa nti temuli kawuka ka kolona." }, { "english": "The Ugandan who arrived from Dubai is the first confirmed coronavirus case in Uganda.", "luganda": "Munnayuganda eyavudde e Dubai ye muntu eyasoose okuzuulibwamu akawuka ka kolona mu Uganda." }, { "english": "Everyone is advised to stay alert and calm in case they showcase coronavirus symptoms.", "luganda": "Buli omu aweebwa amagezi okubeera bulindaala era nga mukkakkamu singa alaga obubonero bw'akawuka ka kolona." }, { "english": "A coronavirus case was confirmed in Uganda.", "luganda": "Omulwadde w'akawuka ka korona yakakasiddwa mu Uganda." }, { "english": "Entebbe International Airport was closed as a measure to curb the spread of coronavirus.", "luganda": "Ekisaawe ky'ennyonyi eky' Entebbe kyaggalwa ngengeri y'okukendeeza ku kusaasaana kw'akawuka ka korona." }, { "english": "Eight new coronavirus cases have been confirmed by the Ministry of Health.", "luganda": "Abalwadde abalala munaana bakakasiddwa Minisitule y'ebyobulamu." }, { "english": "People in urban areas have been heavily affected by the pandemic.", "luganda": "Abantu b'omu bibuga bakoseddwa nnyo ekirwadde bbunansi." }, { "english": "You can prevent the spread of coronavirus by practising social distancing.", "luganda": "Osobola okutangira okusaasaana kw'akawuka ka korona ng'owa amabanga." }, { "english": "Wash your hands with soap and water for twenty seconds three times a day.", "luganda": "Naaba engalo zo ne sabbuuni n'amazzi okumala obutikitiki abiri emirundi esatu olunaku." }, { "english": "Every Ugandan has something to say about the coronavirus outbreak in Uganda.", "luganda": "Buli munnayuganda alina ekyokwogera ku kubalukawo kw'akawuka ka kolona mu Uganda." }, { "english": "The ministry of health is working with its partners on better sensitisation channels.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu ekolagana ne bannamikago baayo ku mpenda ezisingako ez'okubunyisa amawulire." }, { "english": "He met with the Health Services Director-General.", "luganda": "Yasisinkanye ne health Services Director-General." }, { "english": "The Virus Research Institute runs the Coronavirus samples.", "luganda": "Ekkeberero ly'obuwuka obusirikitu likebera sampolo z'akawuka ka kolona." }, { "english": "Why don't you stay at home if you are not feeling well?", "luganda": "Lwaki tosigala ewaka bw'oba teweewulira bulungi?" }, { "english": "Coronavirus cases are increasing in Uganda.", "luganda": "Abalwadde b'akawuka ka kolona beeyongera mu Uganda." }, { "english": "Pregnant women need special attention while in the hospital.", "luganda": "Abakyala ab'embuto beetaaga okufiibwako ennyo nga bali mu malwaliro." }, { "english": "We have three new cases of coronavirus patients today.", "luganda": "Tulina abalwadde b'akawuka ka kolona abapya basatu leero." }, { "english": "Company staff are now testing positive for coronavirus.", "luganda": "Abakozi ba kkampuni kati bazuulibwamu akawuka ka kolona." }, { "english": "The pandemic cases in that district are now reducing.", "luganda": "Abazuulwamu ekirwadde bbunansi mu disitulikiti eyo kati bakendeera." }, { "english": "The clinic has taken the baby's parents to the police because they failed to pay for the surgery.", "luganda": "Eddwaliro litutte bazadde b'omwana ku poliisi kubanga baalemereddwa okusasulira okulongoosebwa." }, { "english": "The health minister has emphasized the need to have good regional hospitals.", "luganda": "Minisita w'ebyobulamu akkaatirizza obwetaavu bw'okuba n'amalwaliro g'ebitundu amalungi." }, { "english": "Health centres should opt for more accurate ways of blood testing.", "luganda": "Ebifo ebijjanjabirwamu birina okunoonya engeri endala entuufu ez'okukebera omusaayi." }, { "english": "It is absurd that people are still dying of diseases which are preventable.", "luganda": "Kya nnaku nti abantu bakyafa endwadde ezeewalibwa." }, { "english": "We should stand together with those who are suffering from heart diseases.", "luganda": "Tulina okuyimirira wamu n'abo abalina endwadde z'omutima" }, { "english": "Coronavirus cases and deaths have risen.", "luganda": "Abalina akawuka ka kolona n'abafa beeyongedde." }, { "english": "The elections are likely to be violent and may lead to the spread of the virus.", "luganda": "Okulonda kwandiba okw'akavuyo era kuyinza okuviirako okusaasaana kw'akawuka." }, { "english": "Branded milk is safer for children compared to milk sold on the streets.", "luganda": "Amata amasabike malungi ku baana okusinga ku ago agatundibwa ku nguudo." }, { "english": "Teenage pregnancies are on the increase and something should be done about it.", "luganda": "Embuto mu bavbuka zeeyongedde era walina okubaawo ekikikolebwako." }, { "english": "The number of coronavirus disease infections and deaths increases every now and then.", "luganda": "Omuwendo gw'abalina akawuka ka kolona n'abafa gweyongera buli lukya." }, { "english": "Government reports show that minors too can get infected with the coronavirus.", "luganda": "Alipoota za gavumenti ziraga nti abankuseere nabo basobola okukwatibwa akawuka ka kolona." }, { "english": "A patient who died of coronavirus disease will be laid to rest this September.", "luganda": "Omulwadde eyafa obulwadde bw'akawuka ka kolona ajja kuziikibwa omwezi guno ogwomwenda" }, { "english": "You can only find out if you have coronavirus disease after being diagnosed.", "luganda": "Osobala okukizuula nti olina obulwadde bw'akawuka ka kolona oluvannyuma lw'okukeberebwa." }, { "english": "If you want to keep healthy you have to do daily exercises.", "luganda": "Bw'oba oyagala okusigala ng'oli mulamu olina okukola dduyiro buli lunaku." }, { "english": "In Uganda online media platforms have to get authorisation nowadays.", "luganda": "Mu Uganda emikutu gy'amawulire egy'oku mutimbagano ennaku zino girina okufuna olukusa." }, { "english": "The seminar for fighting fake news has been arranged.", "luganda": "Omusomo gw'okulwanisa amawulire amafu gutegekeddwa." }, { "english": "It is interesting that we now have to pay tax to use the phone.", "luganda": "Kisanyusa nti kati tulina okusasula omusolo okukozesa essimu." }, { "english": "Uganda needs a good data privacy policy.", "luganda": "Uganda yeetaaga etteeka eddungi ku data ow'ekyama." }, { "english": "The communications regulator ensures telecommunication companies follow set guidelines.", "luganda": "Omulungamya w'ebyempuliziganya afuba okulaba nti kkampuni z'empuliziganya zigoberera ebiragiro ebiteereddwawo." }, { "english": "Garbage should be collected daily or burnt.", "luganda": "Kasasiro alina okukungaanyizibwa buli lunaku oba okwokyebwa." }, { "english": "Cholera is a disease caused by poor sanitation.", "luganda": "Kolera bulwadde obuleetebwa bukyafu." }, { "english": "Irresponsible members in the community dump garbage anywhere.", "luganda": "Abantu abatali ba buvunaanyizibwa mu kitundu basuula kasasiro buli wamu." }, { "english": "Garbage attracts flies.", "luganda": "Kasasiro avaako enswera." }, { "english": "Some diseases can be prevented.", "luganda": "Endwadde ezimu zisobola okwewalibwa." }, { "english": "Business managers should be mindful of the cleanliness of their surrounding.", "luganda": "Abakulira bizinensi balina okufaayo ku buyonjo bw'ebibeetoolodde." }, { "english": "A dirty environment hinders business growth because it chases away customers.", "luganda": "Ekifo ekikyafu kizingamya okukula kwa bizinesi kubanga kigoba abaguzi." }, { "english": "Garbage stinks when rotten.", "luganda": "Kasasiro awunya ng'avunze." }, { "english": "Authorities should come up with strategies to manage garbage in towns.", "luganda": "Aboobuyinza balina okuvaayo n'empenda okukwasaganyaamu ebisasiro mu bibuga." }, { "english": "Garbage is collected every month to avoid accumulation.", "luganda": "Kasasiro akungaanyizibwa buli mwezi okwewala okuwera." }, { "english": "We advocate for a corrupt-free world.", "luganda": "Tulwanirira ensi etalimu nguzi." }, { "english": "Ugandans are peaceful and loving people.", "luganda": "Bannayungada bantu ba ddembe era abaagala." }, { "english": "International traders face challenges while operating in foreign countries.", "luganda": "Abasuubuzi abasuubula mu nsi endala basanga okusomoozebwa nga bakolera mu nsi engwira." }, { "english": "All neighbouring countries should sign the agreement.", "luganda": "Amawanga gonna ageeriraanye galina okusa omukono ku ndagaano." }, { "english": "Ugandans are very hospitable people.", "luganda": "Bannayuganda bantu baaniriza nnyo." }, { "english": "What is being done to help pregnant mothers in refugee camps?", "luganda": "Ki ekikolebwa okuyamba ba maama ab'embuto mu nkambi z'abanoonyiboobubuddamu?" }, { "english": "Employment leads to improved household income.", "luganda": "Omulimu guleetera okuyingiza okulungi mu maka." }, { "english": "Unity could lead to economic transformation.", "luganda": "Obumu buyinza okuleeta enkyukakyuka mu byenfuna." }, { "english": "International trade is of great benefit to all nations.", "luganda": "Okusuubulagana kw'amawanga kwa muganyulo nnyo eri amawanga gonna." }, { "english": "Border communities need to be very vigilant during this pandemic.", "luganda": "Ebitundu by'oku nsalo byetaaga okubeera bulindaala nnyo mu kiseera kino eky'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "Neighbouring nations need to collaborate.", "luganda": "Amawanga ageeriraanye geetaaga okukolagana." }, { "english": "It seems girl child education is usually taken for granted.", "luganda": "Kirabika okusoma kw'omwana omuwala kutwalibwa nga eky'okusaaga." }, { "english": "The probability that a girl will finish school is lower than that of a boy.", "luganda": "Omukisa gw'omuwala okumalako okusoma guli wansi ku gw'omulenzi." }, { "english": "Government-aided schools provide fair education services to the public.", "luganda": "Amasomero agayambibwako gavumenti gawa abantu ebyenjigiriza ebisaamusaamu." }, { "english": "We should protect and educated girl children.", "luganda": "Tulina okukuuma n'okusomesa abaana abawala." }, { "english": "Early pregnancies have led to increased dropout rates of girl children.", "luganda": "Embuto ez'amangu zireetedde omuwendo gw'abaana abawala abawanduka mu ssomero okweyongera." }, { "english": "Parents should responsibly take care of their children.", "luganda": "Abazadde balina okulabirira abaana baabwe n'obuvunaanyizibwa.." }, { "english": "School dropouts are more common in rural areas.", "luganda": "Abawanduka mu masomero basinga nnyo mu bitundu by'ebyalo." }, { "english": "Fundraising campaigns create awareness about the need to raise funds.", "luganda": "Enteekateeka z'okusonda zireetawo okumanya ku bwetaavu bw'okukungaanya obuyambi." }, { "english": "He managed to complete school because of the support from his education sponsors.", "luganda": "Yasobola okumalako okusoma olw'obuyambi okuva mu bavujjirizi be ab'okusoma." }, { "english": "Lack of tuition fees is one great challenge faced by students.", "luganda": "Ebbula ly'ebisale by'essomero kwe kusoomooza okusinga abayizi kwe basanga." }, { "english": "What reasons do youths give for dropping out of school?", "luganda": "Nsonga ki abavubuka ze bawa okuwanduka mu ssomero?" }, { "english": "Organisations have now come up to help the needy in the community.", "luganda": "Ebitongole kati bivuddeyo okuyamba abeetaavu mu kitundu." }, { "english": "Help the needy members in society.", "luganda": "Yamba abantu abeetaavu mu kitundu." }, { "english": "The local defence unit protects people in the community.", "luganda": "Eggye ekkuumabyalo likuuma abantu mu kitundu." }, { "english": "Recruitment exercise involves interaction between the employer and the applicant.", "luganda": "Omulimu gw'okuyingiza abakozi gubeeramu okutabagana wakati w'omukozesa n'asaba." }, { "english": "Keep trying even if you fail.", "luganda": "Sigala ng'ogezaako ne bw'oba ng'olemeddwa." }, { "english": "Education is the key to success.", "luganda": "Okusoma kye kisumuluzo ky'obuwanguzi." }, { "english": "Education leads to creativity and innovation that could result in development.", "luganda": "Okusoma kuleetawo obuyiiya n'obuvumbuzi ebisobola okuvaamu enkulaakulana." }, { "english": "Most people lose out on job opportunities because they did not attend school.", "luganda": "Abantu abasinga bafiirwa emikisa gy'emirimu kubanga tebaasoma." }, { "english": "Communities should be sensitised on the benefits of education.", "luganda": "Abantu balina okumanyisibwa ku miganyulo gy'okusoma." }, { "english": "Only those that meet the job requirements are called up for an interview.", "luganda": "Abo bokka abatuukiriza ebisaanyizo by'omulimu be bayitibwa ku yintaaviyu." }, { "english": "Recruitments at the district level are usually massive.", "luganda": "Abayingizibwa ku ddala lya disitulikiti bulijjo babeera bangi." }, { "english": "Usually the employer sets a target number of required recruits.", "luganda": "Ebiseera ebisinga omukozesa ateekawo omuwendo gw'abeetaagibwa okuyingizibwa." }, { "english": "Gulu district is one of the districts in Uganda.", "luganda": "Disitulikiti y'e Gulu y'emu ku zi disitulikiti mu Uganda." }, { "english": "Most of the local defence unit recruits are youths.", "luganda": "Abasinga ku baayingiziddwa mu ggye ekkuumabyalo bavubuka." }, { "english": "The local defence unit has cruel officers.", "luganda": "Eggye ekkuuma byalo lirina abakungu ab'ettima." }, { "english": "Adequate planning needs to be done in order to grow the education sector.", "luganda": "Okuteekateeka okumala kwetaaga okukolebwa okusobola okukuza ekisaawe ky'ebyenjigiriza." }, { "english": "Sports and education work should be done hand in hand.", "luganda": "Omulimu gw'ebyemizannyo n'ebyenjigiriza gulina kukolebwa kumu." }, { "english": "The government of Uganda has availed lots of grants for public schools.", "luganda": "Gavumenti ya Uganda etadde obuyambi bungi nnyo mu masomero ga gavumenti." }, { "english": "What causes some children not to pass well in school?", "luganda": "Ki ekireetera abaana abamu obutayita bulungi mu ssomero?" }, { "english": "Agricultural equipment is very expensive for farmers.", "luganda": "Ebintu by'ebyobulimi n'obulunzi bya buseere nnyo eri abalimi." }, { "english": "Many children fail to complete school because of inadequate funds.", "luganda": "Abaana bangi balemererwa okumaliriza okusoma olw'ensimbi ezitamala." }, { "english": "Getting involved in a business is one way of finding children's school fees.", "luganda": "Okwenyigira mu bizinensi y'emu ku ngeri z'okufunamu ebisale by'abaana eby'essomero." }, { "english": "Other sectors like agriculture and business support education in one way or the other.", "luganda": "Ebitongole ebirala nga eky'ebyobulimi ne bizinensi biwanirira ebyenjigiriza mu ngeri emu oba endala." }, { "english": "Education should be affordable for everyone.", "luganda": "Okusoma kulina okuba nga kusoboka eri buli omu." }, { "english": "The education sector requires funding.", "luganda": "Ekitongole ky'ebyenjigiriza kyetaaga okuvujjirirwa." }, { "english": "The community should be sensitised on hygiene and sanitation-related issues.", "luganda": "Abantu balina okutegezebwa ku nsonga ezeekuusa ku buyonjo." }, { "english": "Authorities have the obligation to prevent crime.", "luganda": "Aboobuyinza balina omulimu okutangira omusango." }, { "english": "There is an ongoing project to build toilets for people in the community.", "luganda": "Waliwo pulojekiti y'okuzimbira abantu kaabuyonjo mu kitundu egenda mu maaso." }, { "english": "One needs a licence to operate legally.", "luganda": "Omuntu yeetaaga layisinsi okukolera mu mateeka." }, { "english": "Hygiene is one way of preventing diseases.", "luganda": "Obuyonjo y'emu ku ngeri z'okutangira endwadde." }, { "english": "Misplacement of human waste can lead to diseases.", "luganda": "Okusaasaanya obubi bw'abantu kisobola okuleeta endwadde." }, { "english": "It is hard to find a clean market.", "luganda": "Kizibu okusanga akatale akayonjo." }, { "english": "A market attracts very many people from different societies and backgrounds.", "luganda": "Akatale kasikiriza abantu bangi nnyo okuva mu bitundu n'esibuko ez'enjawulo" }, { "english": "He was falsely accused but let us wait for the court ruling.", "luganda": "Yavunaanibwa mu bukyamu naye ka tulinde ensala ya kkooti." }, { "english": "Some companies failed to pay their workers during the lockdown period.", "luganda": "Kkampuni ezimu zaalemererwa okusasula abakozi baazo mu kiseera k'omuggalo." }, { "english": "Health workers have not been appreciated for their efforts.", "luganda": "Abasawo tebasiimiddwa olw'amaanyi gaabwe." }, { "english": "Workers can now choose to work from home or come to the office.", "luganda": "Abakozi kati basobola okulondako okukolera ewaka oba okujja ku woofiisi." }, { "english": "Coronavirus has spread in every country in the world.", "luganda": "Akawuka ka kolona kasaasaanidde mu buli ggwanga ly'ensi." }, { "english": "Every company is under pressure to provide a safe working environment for its workers.", "luganda": "Buli kkampuni eri mu kaweefube okuteekawo abakozi baayo embeera ennungi ekolerwamu." }, { "english": "Ugandans working abroad have been stopped from coming back due to the pandemic.", "luganda": "Bannayuganda abakolera emitalawaamayanja bayimiriziddwa okudda olw'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "All contracts were terminated by the business owner.", "luganda": "Endagaano zonna zaasazibwamu nnannyini bizinesi." }, { "english": "Employees are encouraged to take leave in order to improve their health.", "luganda": "Abakozi bakubirizibwa okugenda mu luwummula okusobola okutereeza obulamu bwabwe." }, { "english": "Most of the employees decided to resign from the radio station.", "luganda": "Abakozi abasinga baasazeewo okulekulira ku mukutu gwa laadiyo." }, { "english": "Very many people have lost their jobs during the lockdown.", "luganda": "Abantu bangi bafiiriddwa emirimu gyabwe mu kaseera k'omuggalo." }, { "english": "The pandemic caused disruption to many business activities.", "luganda": "Ekirwadde bbunansi kyaleetawo okutaataaganyizibwa mu mirimu gya bizinensi nnyingi." }, { "english": "You should check with the lands office before you buy land.", "luganda": "Olina okukebera mu woofisi y'ebyettaka nga tonnagula ttaka." }, { "english": "I received a message on my phone that money had been paid.", "luganda": "Nafunye obubaka ku ssimu yange nti ssente zaabadde zisasuliddwa." }, { "english": "Where can I find good furniture?", "luganda": "Nyinza kusangawa ebibajje ebirungi?" }, { "english": "I don't have the required qualifications for that job.", "luganda": "Sirina bisaanyizo byetaagisa ku mulimu ogwo." }, { "english": "You need to register your business first.", "luganda": "Weetaaga okusooka okuwandiisa bizinesi yo." }, { "english": "Very many small businesses in Uganda are not registered.", "luganda": "Bizinensi entono nnyingi nnyo mu Uganda tezimanyiddwa." }, { "english": "Refugees need to be helped while in a new country.", "luganda": "Abanoonyiboobubuddamu beetaaga okuyambibwa nga bali mu ggwanga eppya." }, { "english": "I need to renew my driving permit.", "luganda": "Neetaaga okuzza obuggya dulayivingi pamiti yange." }, { "english": "Uganda has closed its borders to stop the spread of Ebola.", "luganda": "Uganda egaddewo ensalo zaayo okukomya okusaasaana kwa Ebola." }, { "english": "Child neglect cases have increased during the lockdown.", "luganda": "Emisango gy'okulagajjalira abaana gyeyongedde mu kiseera k'omuggalo." }, { "english": "It is wrong to release patient records to the public.", "luganda": "Kikyamu okufulumya ebikwata ku mulwadde mu lujjudde." }, { "english": "Every person needs privacy at a certain moment in time.", "luganda": "Buli muntu yeetaaga obwekisize mu budde obumu." }, { "english": "There is an increasing habit of spreading fake news.", "luganda": "Waliwo omuze ogweyongera ogw'okusaasaanya amawulire amafu." }, { "english": "You can not borrow money from that bank without a bank account.", "luganda": "Tosobola kwewola ssente okuva mu bbanka nga tolina akaawunti ya bbanka." }, { "english": "Every company should make sure that its workers have insurance.", "luganda": "Buli kkampuni erina okukakasa nti abakozi baayo bayina yinsuwa." }, { "english": "Businesses in the city centre have been told to close until further notice.", "luganda": "Bizinesi mu kibuga wakati zigambiddwa okuggalawo ekiseera ekitali kigere." }, { "english": "People should take caution before borrowing money from money lenders.", "luganda": "Abantu balina okwegendereza nga tebannaba kwewola ssente okuva mu bawozi ba ssente." }, { "english": "Banks and telecom companies have been told to reduce fees on digital transactions.", "luganda": "Bbanka n'ebitongole by'empuliziganya bigambiddwa okukendeeza ebisale by'okusasula okukolebwa ku mayenjo." }, { "english": "Banks will be open for only six hours a day.", "luganda": "Bbanka zijja kuba nzigule okumala essaawa mukaaga zokka olunaku." }, { "english": "Bank of Uganda supervises all financial institutions in Uganda.", "luganda": "Bbanka ya Uganda erondoola ebitongole by'ensimbi byonna mu Uganda." }, { "english": "The foreign exchange rates are increasing every day.", "luganda": "Emiwendo gy'okuvungisa ensimbi engwira girinnya buli lunaku." }, { "english": "Moneylenders are increasing interests every day.", "luganda": "Abawozi ba ssente bongeza amagoba buli lunaku." }, { "english": "Courts are set to resume after the pandemic.", "luganda": "Kkooti neetegefu okuddamu oluvannyuma lw'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "Time management is very important during a court hearing.", "luganda": "Okwata ebiseera kya mugaso nnyo mu kuwulirwa kwa kkooti." }, { "english": "The judge said that the court will be closed early today.", "luganda": "Omulamuzi yagambye nti kkooti ejja kuggalwawo mangu leero." }, { "english": "Few people will be allowed in court today.", "luganda": "Abantu batono abajja okukkirizibwa mu kkooti leero." }, { "english": "Bail applications will be heard by the court on Friday.", "luganda": "Okusaba kw'okweyimirirwa ku kakalu kujja kuwulirwa kkooti ku lwokutaano." }, { "english": "We need more judges to work on the very many pending cases.", "luganda": "Twetaaga abalamuzi abalala okukola ku misango emingi egitannakolebwako." }, { "english": "The pandemic led to the suspension of all court proceedings.", "luganda": "Ekirwadde bbunansi kyaviirako okuwera entuula za kkooti zonna." }, { "english": "The court judgements can be sent to the applicants via email.", "luganda": "Ensala za kkooti zisobola okusindikirwa omuwaabi okuyita ku mmeyiro." }, { "english": "He made his submission to court last week.", "luganda": "Yawaayo okuwaaba kwe mu kkooti wiiki ewedde." }, { "english": "The chief justice suspended the court hearings after the new presidential directives on Sunday.", "luganda": "Ssaabalamuzi yayongezzaawo entuula za kkooti oluvannyuma lw'ebiragiro bya pulezidenti ku Sande." }, { "english": "Local governments are responsible to enforce regulations.", "luganda": "Gavumenti z'ebitundu zirina obuvunaanyizibwa okukwasisa ebiragiro." }, { "english": "The new health directives will be effective starting tomorrow.", "luganda": "Ebiragiro by'ebyobulamu ebippya bijja kukola okutandika n'enkya." }, { "english": "The president has issued new health directives to the nation.", "luganda": "Pulezidenti ayisizza ebiragiro by'ebyobulamu ebipya eri eggwanga." }, { "english": "The ministry of health can not fight this virus without help from the public.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu tesobola kulwanyisa kawuka kano nga teyambiddwako bantu." }, { "english": "Please take note of the current circumstances before you go on to complain.", "luganda": "Bambi faayo ku mbeera eriwo nga tonnagenda kwemulugunya." }, { "english": "Make sure that your actions are within the law.", "luganda": "Kakasa nti ebikolwa byo biri mu mateeka." }, { "english": "All the measures offered are within the law.", "luganda": "Empenda zonna eziteereddwawo ziri mu mateeka." }, { "english": "New ways of working have come up during the pandemic.", "luganda": "Engeri z'okukola empya zimeruse mu kiseera ky'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "The lawyer requested the judge to settle the case outside the court.", "luganda": "Munnamateeka yasabye omulamuzi okumalira omusango wabweru wa kkooti." }, { "english": "You need to get a lawyer if you want this issue to be resolved.", "luganda": "Weetaaga okufuna munnamateeka bw'oba oyagala ensonga eno okugonjoolwa." }, { "english": "What are the repercussions if he is convicted of fraud?", "luganda": "Biki ebivaamu singa asingisbwa ogw'obufere." }, { "english": "They did not follow the formal process while applying for jobs.", "luganda": "Tebaagoberera mitendera mitongole nga basaba emirimu." }, { "english": "You need to make a decision today.", "luganda": "Weetaaga okukola okusalawo leero." }, { "english": "The court hearing for the murder case is next week.", "luganda": "Okuwulirwa kwa kkooti okw'omusago gw'obutemu kwa wiiki ejja." }, { "english": "I could not believe the court ruling was on our side.", "luganda": "Nabadde sikkiriza nti ensala ya kkooti yabadde ku ludda lwaffe." }, { "english": "They need to get legal advice from the right lawyer.", "luganda": "Beetaaga okufuna okuwabulwa ku by'amateeka okuva ku munnamateeka omutuufu." }, { "english": "The fate of this court case is in hands of the judge.", "luganda": "Ekinaava mu musango guno kiri mu mikono gya mulamuzi." }, { "english": "What happened between them?", "luganda": "Ki ekyatuukawo wakati waabwe?" }, { "english": "Everyone needs the freedom to freely express their ideas.", "luganda": "Buli omu yeetaaga eddembe okwoleka endowooza ze mu bwetaaye." }, { "english": "We had a very long discussion on phone.", "luganda": "Twanyumizza ebbanga ddene nnyo ku ssimu." }, { "english": "Some of the court rules have nothing to do with the actual dispute.", "luganda": "Amateeka ga kkooti agamu tegalina kya manyi kya kukola ku butakkaanya obuliwo." }, { "english": "The court hearing is tomorrow before noon.", "luganda": "Okuwulirwa kwa kkooti kwa nkya nga tezinnawera ssaawa mukaaga ez'emisana." }, { "english": "When will the court ruling be made?", "luganda": "Ensala ya kkooti kunaakolebwa ddi?" }, { "english": "This is a very sensitive case.", "luganda": "Guno omusango gwa maanyi nnyo." }, { "english": "You can not rely on everyone.", "luganda": "Tosobola kwesigama ku buli omu." }, { "english": "Nothing said in this discussion should be disclosed to the public.", "luganda": "Tewali kyogeddwa mu kubaganya birowoozo kuno kirina kwasanguzibwa mu lujjudde." }, { "english": "The information in the mediation is very confidential.", "luganda": "Obubaka mu kuteesaganya bwa kyama nnyo." }, { "english": "The good thing about settling a case at mediation is confidentiality.", "luganda": "Ekintu ekirungi ku kuteesaganya ku musango kwe kukuuma ebyama." }, { "english": "To successfully settle the case outside court every party needs to give up something.", "luganda": "Okugonjoola obulungi omusango wabweru wa kkooti buli ludda lwetaaga okubaako ne kye lweresa." }, { "english": "Usually the parties are given an opportunity to work out their relationships.", "luganda": "Ebiseera ebisinga abantu baweebwa omukisa okukola ku nkolagana zaabwe." }, { "english": "When a case is settled at mediation it's different from a normal court case.", "luganda": "Omusango bwe guggwera mu kuteesaganya gwawukana ku musango kkooti ogwa bulijjo.." }, { "english": "Parties rarely reconcile after settling these cases.", "luganda": "Enjuyi zirwawo okutabagana oluvannyuma lw'okugonjoola emisango gino." }, { "english": "You need proof before you take him to court.", "luganda": "Weetaaga obukakafu nga tonnamutwala mu kkooti." }, { "english": "Many become friends again after settling their cases at mediation.", "luganda": "Bangi baddamu okufuuka ab'emikwano oluvannyuma lw'okumalira emisango gyabwe mu kuteesaganya." }, { "english": "Each party bears its costs when you settle the case at mediation", "luganda": "Buli ludda lukola ku misoso gyalwo bwe mumalira omusango mu kuteesaganya." }, { "english": "Many people never recover the expenses of the trial.", "luganda": "Abantu bangi tebaddizibwa ssente ze bakozesa mu kulabikako mu kkooti." }, { "english": "A lot of costs were incurred in paying lawyers and transporting of witnesses.", "luganda": "Ssente nnyingi zaasaasaaanyizibwa mu kusasula bannamateeka n'okutambuza kw'abajulizi." }, { "english": "He was asked for a lot of money to be bailed out.", "luganda": "Yasabibwa ensimbi nnyingi nnyo okweyimirirwa." }, { "english": "Justice delayed is justice denied.", "luganda": "Obwenkanya obulwisiddwa bwe bwenkanya obugaaniddwa." }, { "english": "The plaintiff wasn't satisfied with the court ruling.", "luganda": "Omuwaabi teyali mumativu na nsala ya kkooti." }, { "english": "The defendant may be dead before the next court meeting.", "luganda": "Omuwawaabirwa ayinza okuba omufu ng'olutuula lwa kkooti terunnaba." }, { "english": "The wife and the husband will be brought to court on Monday.", "luganda": "Omwami n'omukyala bajja kuleetebwa mu kkooti ku Mande." }, { "english": "The judge usually decides what happens in court.", "luganda": "Omulamuzi ebiseera ebisinga y'asalawo ekibaawo mu kkooti." }, { "english": "Everyone is waiting for the court ruling.", "luganda": "Buli omu alindiridde ensala ya kkooti." }, { "english": "We prepared the evidence early enough before the next court sitting.", "luganda": "Twateekateeka obujulizi amangu ddala ng'olutuula lwa kkooti olulala terunnaba." }, { "english": "This dispute can only be settled in the courts of law.", "luganda": "Obutakkaanya buno busobola kugonjoolebwa mubuga z'amateeka mwokka." }, { "english": "The lawyer advised that settling the case at mediation will save time.", "luganda": "Munnamateeka yawabudde nti okumaliriza omusango mu kuteesaganya kijja kutaasa obudde." }, { "english": "The judge hasn't arrived yet.", "luganda": "Omulamuzi tannatuuka." }, { "english": "Sometimes court allows parties to resolve issues outside court.", "luganda": "Emirundi egimu kkooti ekkiriza enjuyi okugonjoolera ensonga wabweru wa kkooti." }, { "english": "They need to choose a mediator who has the relevant qualifications.", "luganda": "Beetaaga okulonda omutabaganya alina ebisaanyizo ebyetaagisa." }, { "english": "The defendant requested an interpreter before he could say anything in court.", "luganda": "Avunaanibwa yasaba omutapusi nga tannabaako ky'ayogera kkooti." }, { "english": "Thirteen years have passed since mediation was introduced by the High Court.", "luganda": "Emyaka kkumi n'esatu giyiseewo okuva okuteesaganya lwe kwateekebwawo kkooti enkulu." }, { "english": "Twenty-five per cent of convicted criminals are not criminals.", "luganda": "Ebitundu abiri mu bitaano ku buli kikumi eby'abasingisibwa emisango si bazzi ba misango." }, { "english": "Uganda produces the second-best lawyers in East Africa followed by Tanzania and Rwanda.", "luganda": "Uganda efulumya bannamateeka abakwata ekyokubiri mu bulungi mu East Africa n'eddirirwa Tanzania ne Rwanda." }, { "english": "To avoid going to court one needs to avoid committing crimes.", "luganda": "Okwewala okugenda mu kkooti omuntu yeetaaga okwewala okuzza emisango." }, { "english": "You should file a suit against that company.", "luganda": "Olina okuggulawo omusango ku kkampuni eyo." }, { "english": "The prosecutor couldn't answer the judge's question.", "luganda": "Omuwaabi yali tasobola kuddamu kibuuzo kya mulamuzi." }, { "english": "Everyone has a right to seek justice.", "luganda": "Buli omu alina eddembe okunoonya obwenkanya." }, { "english": "Laws at times oppress and lead people to death.", "luganda": "Amateeka olumu ganyigiriza ne galeetera abantu okufa." }, { "english": "The bail application is acceptable in court.", "luganda": "Okusaba kw'okweyimiriwa kukkirizibwa mu kkooti." }, { "english": "Wrongdoers should be arrested.", "luganda": "Abakozi b'ebikolobero balina okukwatibwa." }, { "english": "Some people are exempted from punishment.", "luganda": "Abantu abamu basonyiyibwa okubonerezebwa." }, { "english": "The court ruling is legal.", "luganda": "Ensala ya kkooti eri mu mateeka." }, { "english": "Illegal acts are condemned by the court.", "luganda": "Ebikolwa ebita mu mateeka bivumirirwa kkooti." }, { "english": "Criminals should not go unpunished.", "luganda": "Abazzi b'emisango tebalina kugenda nga tebabonerezeddwa." }, { "english": "Uganda's justice system discourages the use of violence in elections.", "luganda": "Enkola y'amateeka ga Uganda tekkiriziganya na kukozesa ffujjo mu kulonda." }, { "english": "Uganda now has a new chief justice.", "luganda": "Uganda kati erina ssaabalamuzi omuggya." }, { "english": "The people who were involved in a church demolition case were released on bail.", "luganda": "Abantu abeenyigira mu musango gw'okumenya ekkanisa baateereddwa ku kakalu ka kkooti." }, { "english": "The president believes that a killer should also be killed.", "luganda": "Pulezidenti akkiriza nti omussi naye asaana kuttibwa." }, { "english": "The lawyer has been moved to another court.", "luganda": "Munnamateeka atwaliddwa mu kkooti endala." }, { "english": "The lawyers talked to the police about the opposition candidate.", "luganda": "Bannamateeka baayogedde ne poliisi ku bikwata ku yeesimbyewo avuganya." }, { "english": "The leader has managed to swear in three new judges.", "luganda": "Omukulembeze asobodde okulayizza abalamuzi basatu abaggya ." }, { "english": "My lawyer is lodging an appeal anytime from today.", "luganda": "Munnamateeka wange ateekateeka okujulira obudde bwonna okuva leero." }, { "english": "A suspect was convicted trying to access the head of the legislature", "luganda": "Ateeberezebwa okuzza omusango yasangiddwa ng'agezaako okutuukirira akulira ebyamateeka" }, { "english": "It's the taxpayer's money that is wasted when the government loses a court case.", "luganda": "Ssente z'omuwi wa musolo ze zoonoonebwa buli gavumenti lw'esingisbwa omusango mu kkooti." }, { "english": "Rules are part of every community.", "luganda": "Amateeka kitundu ku buli kitundu." }, { "english": "Some teachers are usually biased.", "luganda": "Abasomesa abamu ebiseera ebimu beetamwa." }, { "english": "We need honest representatives.", "luganda": "Twetaaga abakiise ab'amazima." }, { "english": "Businesses survive on debt.", "luganda": "Bizinensi ziyimirirawo ku mabanja." }, { "english": "The final judgement was reached in today's court session.", "luganda": "Okusalawo okwenkomeredde kwatuukiddwako mu lutuula lwa kkooti olwa leero." }, { "english": "I don't like to pay rent.", "luganda": "Saagala kusasula ssente za bupangisa." }, { "english": "Let us share the profits before closing the business.", "luganda": "Tugabana amagoba nga tetunnaggalawo bizinensi." }, { "english": "Courts enforce the available laws.", "luganda": "Kkooti ziteekesa mu nkola amateeka agaliwo." }, { "english": "We need solutions not more complaints.", "luganda": "Twetaaga magezi sso si kwemulugunya kulala." }, { "english": "The sales for this year are more than those for last year.", "luganda": "Ebitundiddwa omwaka guno bisinga eby'omwaka oguwedde." }, { "english": "I am the salesperson for this company.", "luganda": "Nze kitunzi wa kkampuni eno." }, { "english": "I am one of the company representatives.", "luganda": "Nze omu ku bakiikiridde kkampuni." }, { "english": "Very many people are going to vote in this election.", "luganda": "Abantu bangi nnyo bagenda kulonda mu kulonda kuno." }, { "english": "I want to start a mobile money business in Kasubi.", "luganda": "Njagala kutandika bizinensi ya mobile money mu Kasubi." }, { "english": "You have no reason to fear.", "luganda": "Tewali nsonga lwaki otya." }, { "english": "Can you please relax?", "luganda": "Osobola okukkakkana bambi ?" }, { "english": "A taxpayer must have a tax identification number.", "luganda": "Omuwiwoomusolo alina okuba n'ennamba gy'asasulirako." }, { "english": "Fraud is on the increase in Kampala.", "luganda": "Obufere bweyongedde mu Kampala." }, { "english": "Some shops in town do not pay taxes.", "luganda": "Amaduuka agamu mu kibuga tegasasula musolo." }, { "english": "Taxpayers' records should be kept safely for future reference.", "luganda": "Obukakafu bw'abasasula omusolo bulina kukuumibwa bulungi ng'obujulizi mu biseera by'omu maaso." }, { "english": "Tax fraud is illegal and punishable by law.", "luganda": "Okwebalama omusolo musango era kibonerezebwa mu mateeka." }, { "english": "Some citizens do not like to pay tax.", "luganda": "Abatuuze abamu tebaagala kusasula musolo." }, { "english": "There are many con men in town.", "luganda": "Abakyalakimpadde bangi mu kibuga." }, { "english": "Evidence confirms allegations made.", "luganda": "Obujulizi bukakasa engambo ezikoleddwa." }, { "english": "The government is taxing citizens by taxing products for home use.", "luganda": "Gavumenti eteeka omusolo ku bannansi ng'egussa ku bintu ebikozesebwa ewaka." }, { "english": "Some cases are referrals for purposes of the law.", "luganda": "Emisango egimu gyongezebwayo olw'amateeka." }, { "english": "Courts must give a fair and just ruling.", "luganda": "Kkooti zirina okuwa ensala ennungi era ez'obwenkanya." }, { "english": "One is innocent until proven guilty.", "luganda": "Omuntu taba na musango okutuusa ng'asingisiddwa." }, { "english": "Legislators are the leading lawbreakers", "luganda": "Abakozi b'amateeka be basinga okugamenya." }, { "english": "Every business must file a tax return.", "luganda": "Buli bizinensi erina okulaga bw'ezze esasula omusolo." }, { "english": "Fraud is punishable by law.", "luganda": "Obufere kikangavvulwa mu mateeka." }, { "english": "The revenue authority team at the border is very tough.", "luganda": "Ttiimu ewooza omusolo ku nsalo nkambwe nnyo." }, { "english": "Value-added tax is commonly charged on products.", "luganda": "Omusolo ogw'ennyongereza gutera kuggyibwa ku byamaguzi." }, { "english": "The accused shaded tears in court to try and prove her innocence.", "luganda": "Avunaanibwa yakaabidde mu kkooti okugezaako okukakasa nti talina musango." }, { "english": "Laws have been established to prevent fraud and other related crimes.", "luganda": "Amateeka gateekeddwawo okwewala obufere n'emisango egiringa egyo." }, { "english": "We need to add new stock to the shop next month.", "luganda": "Twetaaga okwongeramu ebintu ebipya mu dduuka omwezi ogujja." }, { "english": "This court case is taking longer than we anticipated.", "luganda": "Omusanga gwa kkooti guno guluddewo okusinziira ku bwe twali tulowooza." }, { "english": "Decisions made must be clear and understandable for everyone.", "luganda": "Okusalawo okukolebwa kulina okuba okutangaavu era nga kutegeerebwa buli muntu." }, { "english": "Allegations alone are not enough to prove that one is guilty.", "luganda": "Engambo zokka tezimala kukakasa nti muntu alina omusango." }, { "english": "Uganda Revenue Authority is in charge of collecting taxes in Uganda.", "luganda": "Uganda Revenue Authority evunaanyizibwa ku kukungaanya omusolo mu Uganda." }, { "english": "It is the taxpayers' obligation to pay taxes every financial year.", "luganda": "Buvunaanyizibwa bwa muwiwamusolo okusasula omusolo buli mwaka gw'ebyenfuna." }, { "english": "What makes some things to become too hard to understand?", "luganda": "Kiki ekifuula ebintu ebimu ebizibu by'okutegeera?" }, { "english": "Court operates on evidence availed.", "luganda": "Kkooti ekolera ku bujulizi obuliwo." }, { "english": "Civil servants need a pay rise.", "luganda": "Abakozi ba gavumenti beetaaga okwongezebwa omusaala" }, { "english": "Every business needs to pay its taxes on time.", "luganda": "Buli bizinensi yeetaaga okusasula omusolo gwayo mu budde." }, { "english": "The manager was fired due to allegations of fraud made by employees.", "luganda": "Omukulu yagobeddwa olw'engambo z'obufere ezaakolebwa abakozi." }, { "english": "Tax fraud is increasing.", "luganda": "Okufera omusolo kweyongedde." }, { "english": "Penalties are small punishments usually for not doing something on time.", "luganda": "Engassi bwe bubonerezo obutono obutera obuweebwa olw'obutakola kintu mu budde." }, { "english": "Taxpayers are usually not comfortable declaring all their earnings.", "luganda": "Abawiboomusolo tebatera kuba batebenkevu okwogera ennyingiza zaabwe zonna." }, { "english": "Every purchase is taxed.", "luganda": "Buli kigulibwa kiriko omusolo." }, { "english": "Business owners should be aware of their obligation to pay taxes.", "luganda": "Bannanyini bizinensi balina okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe obw'okusasula omusolo." }, { "english": "Tax reduces one's profitable income.", "luganda": "Omusolo gukendeeza ku magoba g'omuntu." }, { "english": "Why should credit be given to this customer?", "luganda": "Lwaki omuguzi ono yandiweereddwa ebbanja?" }, { "english": "Companies send invoices to each other in case of any transactions between them.", "luganda": "Kkampani zeeweereza obubaka bwe waba nga waliwo okugulaganya okukoleddwa wakati waazo." }, { "english": "Most taxpayers feel that tax is a burden to them.", "luganda": "Abawiboomisolo abasinga bawulira ng'omusolo mugugu gye bali." }, { "english": "Courts handle all sorts of cases that are legally abiding.", "luganda": "Kkooti zikwasaganya emisango egy'engeri yonna egiri mu mateeka." }, { "english": "With improved technology people now find it easy to pay taxes.", "luganda": "Ne tekinologiya eyeeyongedde abantu kati banguyirwa okusasula omusolo." }, { "english": "High taxes lead to increased prices.", "luganda": "Emisolo egya waggulu gireetera emiwendo okulinnya." }, { "english": "Washing of hands is now the order of the day.", "luganda": "Okunaaba engalo kati mugano." }, { "english": "Controls and measures are put to prevent the spread of diseases.", "luganda": "Enziyiza n'emitendera biteekebwawo okutangira okusaasaana kw'endwadde." }, { "english": "People are tested first before any disease is confirmed.", "luganda": "Abantu basooka kukeberwa nga tewannabaawo bulwadde bwonna bukakasibwa." }, { "english": "Quarantine is now a mandate for all people coming from abroad.", "luganda": "Kalantiini kati ya buwaze eri abantu bonna abava ebweru w'eggwanga." }, { "english": "Public needs restrictions on certain things.", "luganda": "Abantu beetaaga okugaanibwa ebintu ebimu." }, { "english": "Viral diseases can lead to deaths.", "luganda": "Endwadde ezireetebwa obuwuka zisobola okuviirako okufa." }, { "english": "Coronavirus patients are under strict observation.", "luganda": "Abalwadde b'akawuka ka kolona bali mu kwekenneenyezebwa okw'amaanyi." }, { "english": "Good pay can be a great motivation for medical officers.", "luganda": "Okusasula okulungi kusobola okuba okuzzaamu abasawo amaanyi okw'enkizo." }, { "english": "Medical officers put on gloves and masks to avoid direct contact with infected patients.", "luganda": "Abasawo bambala giraavuzi n'obukookola okwewala okukwata obutereevu ku balwadde." }, { "english": "People go to hospitals for health assistance.", "luganda": "Abantu bagenda mu malwaliro okufuna obujjanjabi." }, { "english": "Coronavirus has killed four members of parliament.", "luganda": "Akawuka ka kolona kasse abakiise mu paalamenti bana." }, { "english": "Patients need treatment to be well.", "luganda": "Abalwadde beetaaga obujjanjabi okuba obulungi." }, { "english": "Livestock can be a source of income.", "luganda": "Obulunzi busobola okuba ensibuko y'ensimbi." }, { "english": "Concerts usually attract people from different homes and societies.", "luganda": "Ebivvulu bitera okukungaanya abantu okuva mu maka n'ebitundu eby'enjawulo." }, { "english": "Public meetings can lead to the spread of the disease.", "luganda": "Enkungaana ziyinza okuviirako okusaasaana kw'obulwadde." }, { "english": "Ceremonies like marriage and funerals shall continue to exist as long as people exist.", "luganda": "Emikolo nga embaga n'okuziika gijja kwongera okubaawo kasita abantu banaasigalawo." }, { "english": "Places of worship are a source of hope to the majority of the people.", "luganda": "Amazinzizo y'ensibuko y'essuubi eri abantu abasinga obungi." }, { "english": "People go to bars and cinema halls for leisure.", "luganda": "Abantu bagenda mu mabaala ne mu bibanda okwewummuza." }, { "english": "They should have punished him for all the things he did in the past.", "luganda": "Bandimubonerezza olw'ebintu byonna bye yakola emabega." }, { "english": "Every company that pays taxes receives a special rewards.", "luganda": "Buli kkampuni esasula omusolo efuna ekirabo eky'enjawulo." }, { "english": "The government is taxing us almost five times.", "luganda": "Gavumenti etuggyako omusolo kumpi emirundi etaano." }, { "english": "Businesses pay three kinds of taxes.", "luganda": "Bizinensi zisasula omusolo gwa ngeri ssatu." }, { "english": "The president has removed taxes on roadside shops.", "luganda": "Pulezidenti aggye omusolo ku maduuka agali ku mabbali g'enguudo." }, { "english": "How do you reward loyal customers?", "luganda": "Osiima otya abaguzi abeesimbu?" }, { "english": "Everyone was worried about the auditing process.", "luganda": "Buli omu yali mweraliikirivu ku ngeri y'okubalirira." }, { "english": "Most shop owners dodge tax payments.", "luganda": "Bannannyini maduuka abasinga beebalama okusasula omusolo." }, { "english": "Every village should have a court to manage domestic violence issues.", "luganda": "Buli kyalo kirina okuba ne kkooti okukola ku nsonga z'obutabanguko mu maka." }, { "english": "Internet was shut down for five days in Uganda.", "luganda": "Yintaneeti yaggyibwako mu Uganda okumala ennaku ttaano." }, { "english": "The prices of things go up during the festive season.", "luganda": "Emiwendo gy'ebintu girinnya mu biseera by'ebikujjuko." }, { "english": "Nowadays you have to wash your hands before you enter the bank.", "luganda": "Ennaku zino olina okunaaba mu ngalo nga tonnayingira bbanka." }, { "english": "The army has done well in fighting the spread of the disease.", "luganda": "Amagye gakoze bulungi mu kulwanyisa okusaasaana kw'ekirwadde." }, { "english": "Some people take medicine without medical check up.", "luganda": "Abantu abamu bamira eddagala nga tebakebeddwa." }, { "english": "People are quarantined in expensive hotels.", "luganda": "Bantu bateekebwa mu kkalantiini mu wooteeri ez'ebbeeyi." }, { "english": "You should not go to restricted places.", "luganda": "Tolina kugenda mu bifo ebigaaniddwa." }, { "english": "What do you have to say about the new virus?", "luganda": "Kiki ky'olina okwogera ku kawuka akapya?" }, { "english": "It is so sad and painful.", "luganda": "Kya nnaku nnyo era kiruma." }, { "english": "The president said that scientists are going to be paid well.", "luganda": "Pulezidenti yagambye nti bannassaayansi bagenda kusasulwa bulungi." }, { "english": "Two medical doctors have died of corona virus.", "luganda": "Abasawo babiri bafudde akawuka ka kolona." }, { "english": "Nurses in government hospitals should learn to behave well.", "luganda": "Abasawo mu malwaliro ga gavumenti balina okuyiga okweyisa obulungi." }, { "english": "Corona patients are under government observation.", "luganda": "Abalwadde ba korona beekenneenyezebwa gavumenti." }, { "english": "The new doctor was the first to come into the hospital.", "luganda": "Omusawo omupya ye yasoose okujja mu ddwaliro." }, { "english": "Some farmers don't have enough money to rent more land.", "luganda": "Abalimi abamu tebalina ssente zimala okupangisa ettaka eddala." }, { "english": "All December concerts were banned.", "luganda": "Ebivvulu bya Ntenvu byonna byawerebwa." }, { "english": "He fell sick during the meeting.", "luganda": "Yalwalira mu lukiiko." }, { "english": "I missed attending his father's funeral.", "luganda": "Ssaali ku kuziika kwa taata we." }, { "english": "He decided to open up a new church.", "luganda": "Yasazeewo okuggulawo ekkanisa empya" }, { "english": "The bars will not be opened this year.", "luganda": "Amabaala tegajja kuggulawo omwaka guno." }, { "english": "Closure of schools might lead to increased school dropouts.", "luganda": "Okuggalwa kw'amasomero kuyinza okwongera ku muwendo gw'abawanduka mu masomero." }, { "english": "Public gatherings can lead to the spread of the disease.", "luganda": "Enkungaana z'abantu ziyinza okuviirako okusaasaana kw'obulwadde." }, { "english": "Uganda put a ban on the importation of commodities that are locally manufactured.", "luganda": "Uganda yawera okuggya ebweru ebyamaguzi ebikolebwa kuno." }, { "english": "The truth will always set you free.", "luganda": "Amazima gali kufuula ow'eddembe." }, { "english": "Offences are done by people.", "luganda": "Emisango gizzibwa bantu." }, { "english": "Medical information should be accessible to everyone.", "luganda": "Obubaka bw'ekisawo bulina okufunibwa buli omu" }, { "english": "Advice from medical officers is crucial to our healthy wellbeing", "luganda": "Amagezi okuva mu basawo ga mugaso eri bulamu bwaffe." }, { "english": "Medical officers monitor the health state of their patients.", "luganda": "Abasawo balondoola embeera y'abalwadde baabwe." }, { "english": "Quarantining patients helps with diseases control.", "luganda": "Okuteeka abalwadde mu kalantiini kiyamba okiziyiza endwadde." }, { "english": "Different categories of people enter into Uganda.", "luganda": "Ebika by'abantu ab'enjawulo bayingira mu Uganda." }, { "english": "Immigrants in Uganda could be one of the leading causes of diseases.", "luganda": "Abayingira mu Uganda bayinza okuba nga be bamu ku basinga okuleeta endwadde." }, { "english": "Foreigners are welcomed in Uganda.", "luganda": "Abagwira baanirizibwa mu Uganda." }, { "english": "Law and order must be followed and obeyed by the public.", "luganda": "Amateeka n'obutebenkevu birina okugobererwa n'okugonderwa abantu." }, { "english": "Caution must be taken to avoid the spread of diseases.", "luganda": "Tulina okwegendereza okwewala okusaasaana kw'endwadde." }, { "english": "Living in a clean environment prevents diseases.", "luganda": "Okubeera mu kitundu ekiyonjo kitangira endwadde." }, { "english": "Patients ought to follow instructions as given by the doctor.", "luganda": "Abalwadde balina okugobereea ebiragiro nga bwe bibaweebwa omusawo." }, { "english": "A healthy community is the joy of the nation.", "luganda": "Abantu abalamu ly'essanyu ly'eggwanga." }, { "english": "Prevent diseases early in order to avoid later repercussions.", "luganda": "Tangira endwadde nga bukyali okwewala ebinaddirira oluvannyuma." }, { "english": "Laws are implemented for the good of the public.", "luganda": "Amateeka gateekebwa mu nkola ku lw'obulungi bw'abantu." }, { "english": "Employment boosts the economy.", "luganda": "Okukola kutumbula ebyenfuna." }, { "english": "Employers need to show concern for their employees.", "luganda": "Abakozesa balina okulaga okufaayo eri abakozi baabwe." }, { "english": "Unemployment is as a result of various factors.", "luganda": "Ebbula ly'emirimu lireetebwa ensonga ez'enjawulo." }, { "english": "A job is a source of financial hope for most employees.", "luganda": "Omulimi nsibuko ya ssuubi lya ssente eri abakozi abasinga." }, { "english": "In some companies employees work on schedule.", "luganda": "Mu kkampani ezimu abakozi bakolera ku budde." }, { "english": "Employees are obligated to work during working hours.", "luganda": "Abakozi bateekeddwa kukola mu ssaawa ez'okukola." }, { "english": "Employees assist in company decision making.", "luganda": "Abakozi bayambako kkampuni mu kukola okusalawo." }, { "english": "Every business aims at making a profit.", "luganda": "Buli bizinensi eruubirira kukola magoba." }, { "english": "An employee can not rejoice upon termination.", "luganda": "Omukozi tasobola kusanyuka ng'agobeddwa." }, { "english": "Informally hired employees are just fired without a termination contract.", "luganda": "Abakozi ab'ekimpatiira bagobwa nga tewali endagaano esaziddwamu." }, { "english": "I will not resign this year.", "luganda": "Sijja kulekulira omwaka guno." }, { "english": "You should throw a party for your employees before this year ends.", "luganda": "Olina okuteekayo akabaga k'abakozi bo ng'omwaka guno tegunnagwako." }, { "english": "You have a right to work.", "luganda": "Olina eddembe okukola." }, { "english": "What are some of the economic difficulties facing businesses?", "luganda": "Biki ebimu ku bizibu ebyenfuna ebiri mu bizinensi?" }, { "english": "A four weeks notice should be given to employees before termination.", "luganda": "Ekimanyiso kya wiiki nnya kirina okuweebwa omukozi nga tannagobebwa." }, { "english": "Factories with more than ten employees are thinking of laying off workers.", "luganda": "Amakolero agalina abakozi abasukka mu kkumi galowooza kusalako bakozi." }, { "english": "Why don't you work from home instead of going to the office?", "luganda": "Lwaki tokolera waka mu kifo ky'okugenda ku woofiisi?" }, { "english": "Non-essential workers will be affected by the pandemic.", "luganda": "Abakozi abateetaagisa nnyo bajja kukosebwa ekirwadde bbunansi." }, { "english": "Employees will not work during leave periods.", "luganda": "Abakozi tebajja kukola mu biseera by'oluwummula." }, { "english": "When are you planning to start a business?", "luganda": "Otegese ddi okutandika bizinensi?" }, { "english": "Employees are entitled to paid sick leave.", "luganda": "Abakozi bateekeddwa okusasulibwa mu luwummula nga balwadde." }, { "english": "Employers and employees should discuss paid or unpaid leave.", "luganda": "Abakozesa n'abakozi balina okuteesa ku luwummula olw'okusasulibwa oba olutali lwa kusasulibwa." }, { "english": "We are in dangerous times.", "luganda": "Tuli mu budde buzibu." }, { "english": "Employees were advised to take annual leave during the lockdown days.", "luganda": "Abakozi baasabiddwa okuwummulamu oluvannyuma lw'omwaka mu nnaku z'omuggalo." }, { "english": "Paid or unpaid leave should be justified.", "luganda": "Oluwummula olw'okusasulibwa oba olutali lwa kusasulibwa zirina okwawulibwa." }, { "english": "Employers should not force employees to go on leave.", "luganda": "Abakozesa tebalina kukaka bakozi kugenda mu luwummula." }, { "english": "Employee leave is only granted when requested.", "luganda": "Oluwummula lw'omukozi luweebwa wokka ng'olusabye." }, { "english": "Employees can reject leave suggested by employers.", "luganda": "Abakozi basobola okugaana oluwummula olubaweereddwa abakozesa." }, { "english": "We don't have enough financial capacity.", "luganda": "Tetulina busobozi bwa nsimbi bumala." }, { "english": "Some workers can work from home.", "luganda": "Abakozi abamu basobola okukolera ewaka." }, { "english": "Some employees receive an hourly pay based on daily completion of work.", "luganda": "Abakozi abamu basasulwa ssaawa okusinziira ku mulimu ogumaliriziddwa olunaku." }, { "english": "Patients visitors' are going to be affected by the new guidelines.", "luganda": "Abakyalira abalwadde bagenda kukosebwa ebiragiro ebipya." }, { "english": "I need a job that pays me a monthly salary.", "luganda": "Neetaaga omulimu ogunsasula buli mwezi." }, { "english": "The recruitment of a new employee will take some time.", "luganda": "Okuleeta omukozi omupya kijja kutwalamu obudde." }, { "english": "My employers reasons for terminating my contract are not sufficient.", "luganda": "Ensonga za mukama wange ez'okusazaamu endagaano yange tezimatiza." }, { "english": "Every business is struggling in this pandemic.", "luganda": "Buli bizinensi erwana okubeerawo mu kaseera kano ak'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "There should be a reason for employee termination just as there was for employment.", "luganda": "Walina okubaawo ensonga okugoba omukozi nga bwe kyali nga aweebwa omulimu." }, { "english": "There should be justifiable reasons for employee termination.", "luganda": "Walina okubaawo ensonga ez'essimba okugoba omukozi." }, { "english": "Some employers are using the pandemic as a reason to terminate employee contracts.", "luganda": "Abakozesa abamu bakozesa ekirwadde bbunansi ng'ensonga y'okusazaamu endagaano z'abakozi." }, { "english": "Some employers are using coronavirus losses as an excuse to terminate employee contracts.", "luganda": "Abakozesa abamu bakozesa okufiirizibwa kawuka ka kolona nga ekyekwaso okusazaamu endagaano z'abakozi." }, { "english": "Businesses need some financial support from the government to survive this period.", "luganda": "Bizinensi zeetaaga okuyambibwako mu byenfuna okuva mu gavumenti okuvvuunuka akaseera kano." }, { "english": "You should mind your employee's health.", "luganda": "Olina okufaayo ku bulamu bw'omukozi wo." }, { "english": "It is illegal for an employee to work without taking leave.", "luganda": "Kimenya mateeka omukozi okukola nga taweebwa luwummula." }, { "english": "I'm going to close this business next year.", "luganda": "Ngenda kuggalawo bizinensi eno omwaka ogujja." }, { "english": "Have you thought about recruiting a new team?", "luganda": "Olowoozezza ku ky'okuleeta ttiimu endala?" }, { "english": "You can terminate the employee's contract if they fail to fulfil their obligations.", "luganda": "Osobola okusazaamu endagaano y'omukozi singa balemererwa okutuukiriza emirimu gyabwe." }, { "english": "We shall settle this matter in courts of law.", "luganda": "Ensonga zino tujja kuzimalira mu kkooti." }, { "english": "How many people do you employ?", "luganda": "Okozesa abantu bameka?" }, { "english": "You need to recruit new employees.", "luganda": "Weetaaga okuyingiza abakozi abapya." }, { "english": "I'm tired of going to the office every Monday.", "luganda": "Nkooye okugenda mu woofiisi buli lwa Mande." }, { "english": "Transparency is very important in a relationship.", "luganda": "Obwerufu kya mugaso nnyo mu nkolagana." }, { "english": "All seasonal markets should close in order to stop the spread of the disease.", "luganda": "Obutale bw'omubuulo bwonna bulina okuyimirizibwa okusobola okutangira ensaasaana y'ekirwadde." }, { "english": "She is on maternity leave up to next year.", "luganda": "Ali mu luwummula lw'okuzaala okutuusa omwaka ogujja." }, { "english": "I need to find a job before the year ends.", "luganda": "Neetaaga okufuna omulimu ng'omwaka tegunnaggwako." }, { "english": "I can't wait to sign a new contract with this company.", "luganda": "Neesunze okuteeka omukono ku ndagaano ne kkampani eno." }, { "english": "Contract terms will guide employers on how to deal with employees.", "luganda": "Ebikkiriziganyizibwako mu ndagaano bijja kulambika abakozesa mu ngeri y'okukwatamu abakozi." }, { "english": "Employers must refer to the employment contract before making any employment decisions.", "luganda": "Abakozesa balina okutunula ku ndagaano y'omulimu nga tebannakola kusalawo kwonna ku mulimu." }, { "english": "Businessmen are not happy with the new tax on imports.", "luganda": "Abasuubuzi si basanyufu n'omusolo omupya ku byamaguzi ebiyingizibwa mu ggwanga." }, { "english": "Employer decisions will affect all employee.", "luganda": "Okusalawo kw'omukozesa kujja kukosa abakozi bonna." }, { "english": "Employer decisions on employees have legal implications.", "luganda": "Okusalawo kw'abakozesa ku bakozi kulina ebikuvaamu mu mateeka." }, { "english": "The coronavirus pandemic has forced employers to cut employees salaries.", "luganda": "Ekirwadde bbunansi eky'akawuka ka kolona kiwalirizza abakozesa okusala emisaala gy'abakozi." }, { "english": "The coronavirus pandemic has disrupted the seasonal market activities.", "luganda": "Ekirwadde bbunansi eky'akawuka ka kolona kitaataaganyizza emirimu gy'obutale obw'emibuulo.." }, { "english": "People have been advised to stay home because of the coronavirus pandemic.", "luganda": "Abantu baweereddwa amagezi okusigala awaka olw'ekirwadde bbunansi eky'akawuka ka kolona." }, { "english": "Customers should be protected from unreasonable price hikes.", "luganda": "Abaguzi balina okutaasibwa ku miwendo egirinnya awatali nsonga." }, { "english": "There should be security measures on the storage and usage of data.", "luganda": "Walina okubaawo obukuumi obussibwa ku nkuuma n'enkozesa y'obubaka." }, { "english": "Data collection can only be done after consent from the owners.", "luganda": "Okukungaanya obubaka kusobola kukolebwa oluvannyuma lw'abuuzibwa okukkiriza." }, { "english": "Public health should be the government's priority.", "luganda": "Gavumenti erina kukulembeza byabulamu by'abantu." }, { "english": "Every patient's details are confidential.", "luganda": "Buli ebikwata ku mulwadde biba bya kyama." }, { "english": "I have heard rumours that a new land bill is coming soon.", "luganda": "Mpulidde engambo nti etteeka eppya ku ttaka lijja." }, { "english": "Information about this issue is very sensitive.", "luganda": "Obubaka ku nsonga eno bwa nkizo nnyo." }, { "english": "Landlords need to be patient with their tenants.", "luganda": "Bannannyini mayumba beetaaga okubeera abagumiikiriza n'abapangisa baabwe." }, { "english": "Tenants need to endeavour to pay their landlords in time.", "luganda": "Abapangisa beetaaga okufuba okusasula bannannyini mayumba mu budde." }, { "english": "Tenants may not effectively pay landlords because of the coronavirus pandemic.", "luganda": "Abapangisa bayinza obutasasula bulungi bannannyini mayumba olw'ekirwadde bbunansi eky'akawuka ka kolona." }, { "english": "it is unlikely that the president will talk about the rent issue.", "luganda": "Tekisuubirwa nti plezidenti anaayogera ku nsonga y'okupangisa." }, { "english": "Tenants need protection from the landlord's oppression.", "luganda": "Abapangisa beetaaga okutaasibwa ku kunyigirizibwa kwa bannanyini mayumba." }, { "english": "We need to find better ways to serve our customers.", "luganda": "Twetaaga okuzuula engeri ennungi okuweerezaamu abaguzi baffe." }, { "english": "Taxpayers are expected to continue paying tax during the coronavirus pandemic.", "luganda": "Abawiboomusolo basuubirwa okusigala nga basasula omusolo mu kaseera k'ekirwadde bbunansi eky'akawuka ka kolona." }, { "english": "Is it illegal to start a business without a certificate?", "luganda": "Kimenya mateeka okutandika bizineesi nga tolina satifiketi?" }, { "english": "Manufacturers of sanitisers will receive tax waivers.", "luganda": "Abakola sanitayiza bajja kusonyiyibwa omusolo." }, { "english": "No disruption is expected when filing tax returns obtaining assessments and tax payment.", "luganda": "Tewali kutaataaganyizibwa kusuubirwa nga tutegeka okusasula omusolo okubalirirwa n'okusasula omusolo." }, { "english": "The public is encouraged to use online services to avoid lining up.", "luganda": "Abantu bakubirizibwa okukozesa obuweereza bw'omutimbagano okwewala okusimba ennyiriri." }, { "english": "Every business has got its own risks.", "luganda": "Buli bizinesi eyina obuzibu bwayo." }, { "english": "We need to sign a contract before we do business together.", "luganda": "Twetaaga okuteeka omukono ku ndagaano nga tetunnaba kukola bizinesi ffenna." }, { "english": "At times it is impossible to fulfil contractual obligations.", "luganda": "Ebiseera ebimu kiba kizibu okutuukiriza ebyateesebwako mu ndagaano." }, { "english": "We are tired of the increasing taxes on clothes.", "luganda": "Tukooye emisolo egyeyongera ku ngoye." }, { "english": "Contracts can easily be changed before being signed.", "luganda": "Endagaano zisobola okukyusibwa nga tezinnassibwako mukono." }, { "english": "The new contracts are still pending.", "luganda": "Endagaano empya tezinnakolebwako." }, { "english": "Employers should mind about the health of their employees.", "luganda": "Abakoseza balina okufa ku bulamu bw'abakozi bwabwe." }, { "english": "Any unforeseen circumstances can lead to a review of contracts.", "luganda": "Ebigwa bitalaze bisobola okuleetera okuddamu okwetegereza endagaano." }, { "english": "Employees have a right to discuss their salary reduction.", "luganda": "Abakozi balina eddembe okuteesa ku kukendeeza omusaala gwabwe." }, { "english": "Street children need to be supported during the lockdown period.", "luganda": "Abaana b'oku nguudo beetaaga okuyambibwa mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "Sick employees are entitled to sick leave.", "luganda": "Abakozi abalwadde bateekeddwa okuweebwa oluwummula lw'obulwadde." }, { "english": "Small scale businesses need financial support.", "luganda": "Obulimu obutonotono bwetaaga obuyambi bwa ssente." }, { "english": "Absence from work is registered as sick leave if the quarantined employee is ill.", "luganda": "Okubulawo ku mulimu kitwalibwa okuba oluwummula lw'obulwadde bwe kiba ng'omukozi ali mu kalantiini muyi." }, { "english": "Employees should not be affected by the quarantine if they can work from home.", "luganda": "Abakozi tebalina kukosebwa kalantiini singa baba basobola okukolera ewaka." }, { "english": "Employers are still expected to pay workers on days they fail to provide work.", "luganda": "Abakozesa era basuubirwa okusasula abakozi ku nnaku ze batasobodde kukola." }, { "english": "Employers should ensure that every employee has work to do.", "luganda": "Abakozesa balina okukakasa nti buli mukozi alina eky'okukola." }, { "english": "Employees decided on the issue of unpaid leave.", "luganda": "Abakozi baasalawo ku nsonga y'oluwummula olutasasulibwa." }, { "english": "Every employee needs a salary increment at a certain point in time.", "luganda": "Buli mukozi yeetaaga okwongezebwa omusaala mu kaseera akamu." }, { "english": "The employer and employee should agree on the salary.", "luganda": "Omukozesa n'omukozi balina okukkaanya ku musaala." }, { "english": "Employers should compensate their employees before terminating their contracts.", "luganda": "Abakozesa balina okuliyirira abakozi baabwe nga tebannasazaamu ndagaano zaabwe." }, { "english": "Employees should be notified before the termination of their contracts.", "luganda": "Abakozi balina okumanyisibwako ng'endagaano zaabwe tezinnasazibwamu." }, { "english": "Termination should only be done if employer business is facing a shutdown.", "luganda": "Okugoba kulina kukolebwa singa bizinensi y'omukozesa eba eggalawo." }, { "english": "Some businesses have shut down because of the pandemic.", "luganda": "Bizinensi ezimu zagaddewo olw'ekirwadde olw'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "It is an act of kindness if employers treat the lockdown period as leave.", "luganda": "Kikola kya kisa singa abakozesa batwala akaseera k'omuggalo ng'oluwummula." }, { "english": "The employee act is against the reduction of employee wages.", "luganda": "Etteeka ly'abakozi terikkaanya na kukendeeza musaala gwa bakozi." }, { "english": "Employees should be paid the same regardless of where they come from.", "luganda": "Abakozi balina kusasulwa kyenkanyi nga tofudde ku wa gye bava." }, { "english": "Irrigation is an important practice in agriculture.", "luganda": "Okufukirira kikolwa kya mugaso mu bulimi." }, { "english": "Farming can improve standards of living.", "luganda": "Obulimi busobola okukyusa obulamu bw'omuntu." }, { "english": "Projects ought to be feasible.", "luganda": "Pulojekiti zirina okuba nga zisoboka." }, { "english": "Crop rotation increases plant yields.", "luganda": "Okulima ebirime eby'enjawulo buli sizoni kyongera ku makungula." }, { "english": "This will raise the productivity of farmers.", "luganda": "Kino kijja kwongera ku nkola y'abalimi." }, { "english": "The agricultural outreaches are being carried out across the country.", "luganda": "Kaweefube w'okulambula ebyobulimi agenda mu maaso okwetooloola eggwanga." }, { "english": "Different means are being used by authorities to educate communities about agriculture.", "luganda": "Engeri ez'enjawulo zikozesebwa aboobuyinza okusomesa abantu ku byobulimi." }, { "english": "People are being sensitized about animal health.", "luganda": "Abantu bamanyisibwa ku bulamu bw'ebisolo." }, { "english": "Many homesteads have a vegetable garden.", "luganda": "Amaka mangi galina ennimiro y'enva endiirwa." }, { "english": "Vegetable growing has been adopted by many people hence increased vegetable oil production.", "luganda": "Abantu bangi bazze mu kulima enva endiirwa ekyongedde ku bungi bwa butto ava mu nva endiirwa." }, { "english": "Crop protection increases food security.", "luganda": "Okukuuma ebirime kyongera ku bungi bw'emmere." }, { "english": "Campaigns should be run to advocate for crop growing and protection.", "luganda": "Enteekateeka zirina okukolebwa okulwanirira okulima ebirime n'okubikuuma." }, { "english": "Vegetable oil production is an example of value addition to agricultural produce.", "luganda": "Okuggya butto mu nva endiirwa kyakulabirako ky'okwongera omutindo ku makungula." }, { "english": "Crops grown include vegetables.", "luganda": "Ebimera ebirimibwa mulimu enva endiirwa." }, { "english": "The focus should be put on agricultural development.", "luganda": "Essira lirina kuteekebwa ku kutumbula bya bulimi." }, { "english": "The nation should be sensitized about the importance of agriculture.", "luganda": "Eggwanga lirina okumanyisibwa ku mugaso gw'okulima." }, { "english": "Several materials is being shared with farmers to upskill them.", "luganda": "Ebintu eby'enjawulo bigabanibwa n'abalimi okuboogiwaza." }, { "english": "Farmers participate in legalisation through their cooperatives.", "luganda": "Abalimi beetaba mu kukola amateeka nga bayita mu bibiina byabwe by'obwegassi." }, { "english": "There is more quality assurance in services purchased by farmers under cooperatives.", "luganda": "Waliwo okweyongera ku mutindo ku bintu ebigulibwa abalimi abali mu bibiina by'obwegassi." }, { "english": "Farmers receive professional advice through cooperatives.", "luganda": "Abalimi bafuna amagezi ag'ekikugu okuyita mu bibiina by'obwegassi." }, { "english": "Farmer cooperatives increase the supply of agricultural products.", "luganda": "Ebibiina by'abalimi eby'obwegassi byongera ku muwendo gw'ebyamaguzi ebyobulimi ku katale." }, { "english": "Farmer cooperatives usually seek collective market for farmers' produce.", "luganda": "Ebibiina by'abalimi eby'obwegassi bitera okunoonyeza awamu akatale k'eby'amaguzi by'abalimi." }, { "english": "There is a lot of advice about farming that can be got from cooperatives.", "luganda": "Waliwo amagezi mangi ku byobulimi agasobola okufunibwa okuva mu bibiina by'obwegassi." }, { "english": "It is cheaper for a single farmer to access certain services under a cooperative.", "luganda": "Kya layisi omulimi okufuna obuweereza nga ali mu kibiina ky'obwegassi." }, { "english": "Farmers should not only think about their local markets.", "luganda": "Abalimi tebalina kulowooza ku katale ka wano kokka." }, { "english": "It is easy to fund farmers that belong to cooperatives.", "luganda": "Kyangu okuteeka ssente mu balimi abali mu bibiina by'obwegassi." }, { "english": "Farmers benefit a lot from being part of cooperatives.", "luganda": "Abalimi baganyulwa nnyo mu kubeera mu bibiina by'obwegassi." }, { "english": "Farmer cooperatives are very instrumental in marketing produce.", "luganda": "Ebibiina by'abalimi eby'obwegassi bya nkiko nnyo mu kulanga ebyamaguzi." }, { "english": "Central Uganda has a high population.", "luganda": "Amasekkati ga Uganda ge gasingamu abantu abangi" }, { "english": "Entrepreneurial farmers should always add value to their produce.", "luganda": "Abalimi abeetandikirawo emirimu balina okwongera omutindo ku bye balima." }, { "english": "Several initiatives are being done to enhance the beef industry.", "luganda": "Kaweefube ow'enjawulo akolebwa okwongera ku by'ennyama y'ente." }, { "english": "There is an increase in water access to farmers today.", "luganda": "Waliwo okweyongera mu kufuna amazzi mu balimi." }, { "english": "There is a need for extra storage facilities of farmer's produce.", "luganda": "Waliwo obwetaavu bw'ebiterekebwamu ebirala ebyo ebiba bikunguddwa." }, { "english": "Farmers store the extra harvest in granaries.", "luganda": "Abalimi batereka amakungula agafisse mu byagi." }, { "english": "Outreaches on good agricultural practices will be carried out.", "luganda": "Okulambula okwesigamiziddwa ku nnima ennungi kujja kukolebwa." }, { "english": "Farmers should consult experts about any challenges in agriculture.", "luganda": "Abalimi balina okwebuuza ku bakugu ku kusoomoozebwa kwonna mu bulimi." }, { "english": "They should also be advised about the most marketable crops in the local market.", "luganda": "Balina n'okuweebwa amagezi ku birime ebisnga okuba ebyettunzi ku katale ka kuno." }, { "english": "Farmers need to be advised about plants to grow in given seasons.", "luganda": "Abalimi beetaaga okuweebwa amagezi ku birime eby'okusimba mu sizoni." }, { "english": "Entrepreneurial skills among farmers help to increase their revenue.", "luganda": "Obukugu bw'okutandikawo bizinensi mu balimi kibayamba okwongera ku nnyingiza yaabwe." }, { "english": "Rabies is one of the diseases that affect animals and people.", "luganda": "Rabies bwe bumu ku ndwadde obukwata ebisolo n'abantu." }, { "english": "Animals also suffer from diseases.", "luganda": "Ebisolo nabyo birwala endwadde." }, { "english": "We need more veterinary doctors in Uganda.", "luganda": "Twetaaga abasawo b'ebisolo abalala mu Uganda." }, { "english": "There is a need for more funding in agriculture", "luganda": "Waliwo obwetaavu bw'okwongera okuvujjirira ebyobulimi." }, { "english": "Technology has a role to play in the agricultural sector.", "luganda": "Tekinologiya akola kinene mu byobulimi." }, { "english": "Some agricultural products are exported as well.", "luganda": "Ebirime ebimu nabyo bitundibwa ebweru w'eggwanga." }, { "english": "Maize is usually in high demand.", "luganda": "Kasooli atera nnyo okubeera ku katale." }, { "english": "Farmers carry out mixed farming.", "luganda": "Abalimi balima batobeka." }, { "english": "Productivity increased with subsidies on agricultural products.", "luganda": "Amakungula geeyongera n'okukendeezebwa kw'emisoso egimu ku byobulimi." }, { "english": "Different farming techniques could be adopted to increase food production.", "luganda": "Ennima ez'enjawulo zandyettaniddwa okwongera ku bungi bw'emmere." }, { "english": "Communities need to be educated about nutrition.", "luganda": "Abantu beetaaga okusomesebwa ku by'endya." }, { "english": "Farmers should be subsidized in order to increase their profits.", "luganda": "Abalimi balina okuwewulwa kw'ebyo bye basaasaanyizaako okusobola okwongeza ku magoba gaabwe." }, { "english": "They studied agriculture and graduated this year.", "luganda": "Baasoma ebyobulimi ne batikkirwa omwaka guno." }, { "english": "People should be educated about their diet.", "luganda": "Abantu balina okusomesebwa ku ndya yaabwe." }, { "english": "Meat production business is doing well these days.", "luganda": "Bizinensi y'ennyama etambula bulungi ennaku zino." }, { "english": "Everyone should ideally take part in policymaking.", "luganda": "Buli muntu yandisaanye okwenyigira mu kubaga amateeka" }, { "english": "Government intervention in agriculture can be through farmer cooperatives.", "luganda": "Okwenyigira kwa gavumenti mu byobulimi kusobola okuyita mu bibiina by'abalimi eby'obwegassi." }, { "english": "Farmer cooperatives can be a marketing base.", "luganda": "Ebibiina by'abalimi eby'obwegassi bisobola okuba entabiro y'akatale." }, { "english": "Farmers cooperatives also offer financial support to farmers.", "luganda": "Ebibiina by'abalimi eby'obwegassi era biwa abalimi obuyambi bw'ensimbi." }, { "english": "Cooperatives offer technical support to farmers.", "luganda": "Ebibiina by'obwegassi biwa abalimi amagezi ag'ekikugu." }, { "english": "Their vision and mission highlight development.", "luganda": "Ekiruubirirwa kyabwe n'ekigendererwa birambika enkulaakulana." }, { "english": "Cattle keepers can also form cooperatives.", "luganda": "Abalunzi b'ente basobola okwekolamu ebibiina by'obwegassi." }, { "english": "Sensitization about different farming practices is ongoing.", "luganda": "Okumanyisibwa ku ngeri ez'okulima n'okulunda ez'enjawulo kugenda mu maaso." }, { "english": "Farmers should be sensitized about agricultural seasons.", "luganda": "Abalimi balina okumanyisibwa ku sizoni z'okulima." }, { "english": "Vanilla is a largely grown cash crop.", "luganda": "Vvanira kye kirime ekitundibwa ekisinga okulimbwa." }, { "english": "Farmers should focus on planting quality seeds for the best harvest.", "luganda": "Abalimi esira balina kulissa ku kusiga nsigo nnungi okufuna amakungula amalungi." }, { "english": "Farmers should know that they reap what they sow.", "luganda": "Abalimu balina okumanya nti kye basiga kye bakungula." }, { "english": "Efforts are being made to improve the health of people living near lake Victoria.", "luganda": "Amaanyi gateekebwamu mu kutumbula ebyobulamu by'abantu ababeera okumpi n'ennyanja Nalubaale." }, { "english": "East Africa greatly benefits from Lake Victoria economically.", "luganda": "East Africa efunamu nnyo mu nnyanja Nalubaale mu byenfuna." }, { "english": "Lake Victoria is large.", "luganda": "Ennyanja Nalubaale nnene." }, { "english": "Lake Victoria has contributed to the development of East Africa.", "luganda": "Ennyanja Nalubaale eyambye mu kukulaakulana kwa East Africa." }, { "english": "Lake Victoria cuts across three East African countries.", "luganda": "Ennyanja Nalubaale eyita mu mawanga ga East Africa essatu." }, { "english": "Challenges faced by youth in agribusiness will be discussed.", "luganda": "Okusoomooza abavubuka kwe basanga mu byobulimi kujja kukubaganyizibwako ebirowoozo." }, { "english": "Youth should be equipped with agribusiness skills.", "luganda": "Abavubuka balina okubangulwa mu byobulimi." }, { "english": "Farmers should seek advice on how to prevent animal diseases.", "luganda": "Abalunzi balina okunoonya engeri gye basobola okutangiramu endwadde z'ebisolo." }, { "english": "Animal diseases lead to low yields.", "luganda": "Endwadde z'ebisolo zireetera amakungula amatono." }, { "english": "Anthrax is not exactly contagious.", "luganda": "Obulwadde bwa Anthrax tebusiigibwa." }, { "english": "Anthrax is more common in animals than people in Uganda.", "luganda": "Mu Uganda obulwadde bwa Anthrax buli nnyo mu bisolo okusinga mu bantu." }, { "english": "Anthrax is quite challenging to control.", "luganda": "Obulwadde bwa Anthrax buzibu nnyo okutangira." }, { "english": "Anthrax can also be contacted by human beings.", "luganda": "Obulwadde bwa Anthrax busobola okukwata abantu." }, { "english": "Anthrax is one of the animal diseases.", "luganda": "Anthrax bumu ku bulwadde bw'ebisolo." }, { "english": "The diseases can be categorized based on different grounds.", "luganda": "Obulwadde busobola okutulubawazibwa okusinziira ku ngeri ez'enjawulo." }, { "english": "Animal diseases are really many.", "luganda": "Endwadde z'ebisolo mu butuufu nnyingi." }, { "english": "Animals are greatly affected by diseases.", "luganda": "Ebisolo bikosebwa nnyo endwadde." }, { "english": "Ugandans rear a wide variety of animals.", "luganda": "Bannayuganda balunda ebisolo eby'enjawulo." }, { "english": "Many Ugandans carry practice agriculture.", "luganda": "Bannayuganda bangi balima n'okulunda." }, { "english": "Contagious diseases spread faster in overpopulated regions.", "luganda": "Endwadde ezisiigibwa zisaasaana mangu mu bitundu ebirimu abantu abangi." }, { "english": "He shared the signs of the disease.", "luganda": "Yagabanye ku bubonero bw'obulwadde." }, { "english": "Unhealthy communities take longer to develop.", "luganda": "Ebyalo ebirimu endwadde birwawo okukulaakulana." }, { "english": "There are many new diseases.", "luganda": "Waliwo endwadde empya nnyingi." }, { "english": "The list of contagious diseases is long.", "luganda": "Olukalala lw'endwadde ezisiigibwa luwanvu." }, { "english": "Awareness of livestock health has been ongoing.", "luganda": "Okumanyisa ku bulamu bw'ebisolo kubadde kugenda mu maaso." }, { "english": "They provided food relief to communities.", "luganda": "Badduukiridde ebyalo n'emmere." }, { "english": "There are demonstrations of different farming practices tomorrow.", "luganda": "Enkya waliwo okwolesa kw'ennima ez'enjawulo." }, { "english": "Many lakes have water hyacinth.", "luganda": "Ennyanja nnyingi ziriko ekiddo." }, { "english": "Biogas is a cheaper energy source.", "luganda": "Amasannyalaze ga nnakavundira ga layisi." }, { "english": "Daily challenges are a gateway to innovation.", "luganda": "Ebizibu bya bulijjo luwenda olukusindiikiriza okuyiiya" }, { "english": "Development is aimed to improve everyone's standard of living.", "luganda": "Enkulaakulana egenderera kutumbula mbeera ya bulamu eya buli muntu.." }, { "english": "Technology has manifested a lot in efforts to improve the agricultural sector.", "luganda": "Tekinologiya yeeyolekedde nnyo mu kaweefube w'okutumbula ebyobulimi." }, { "english": "The agricultural sector should be improved.", "luganda": "Ebyobulimi birina okutumbulwa." }, { "english": "Poultry farming is practised by a good number of people.", "luganda": "Okulunda ebinyonyi kukolebwa abantu abawerako." }, { "english": "I am happy that my old friends finally fell in love with each other.", "luganda": "Ndi musanyufu nti mikwano gyange emikadde gyamaze ne gyagalana." }, { "english": "It is always good to have a role model.", "luganda": "Kirungi okuba n'omuntu gwe weegomba." }, { "english": "What age should one stop being single?", "luganda": "Myaka emeka omuntu gy'alina okukomako nga tannafumbirwa?" }, { "english": "Thanks to living veterans who serve their country.", "luganda": "Okwebaza eri abaazirwanako abaweereza eggwanga lyabwe." }, { "english": "Losers can be winners too.", "luganda": "Abawanguddwa nabo basobola okuba abawanguzi." }, { "english": "Outrage is a feeling of anger and shock.", "luganda": "Okukambuwala kuva ku kunyiiga na kwennyamira." }, { "english": "Protests can lead to death.", "luganda": "Obwediimo busobola okukuviirako okufa." }, { "english": "Everyone has something they cherish at heart.", "luganda": "Buli omu ayina ekintu ky'atwala ng'eky'omuwendo ku mutima." }, { "english": "Durable items are the most expensive on the market.", "luganda": "Ebintu ebiwangaazi bye bisinga okuba eby'ebbeeyi ku katale." }, { "english": "Age should not be a limitation for anything you may want.", "luganda": "Emyaka tegirina kukulemesa kintu kyonna kye wandyagadde." }, { "english": "We all should love one another.", "luganda": "Ffenna tulina okwagalana." }, { "english": "While at the hill you can easily have a wider view of the surrounding.", "luganda": "Bw'obeera ku kasozi osobola okwanguyirwa okulaba ebikwetoolodde." }, { "english": "Men of late are fond of gossiping with fellow men.", "luganda": "Abasajja ennaku zino bamanyi okukola olugambo ne basajja bannaabwe." }, { "english": "Fulfilling promises is one way of winning one's trust.", "luganda": "Okutuukiriza ebisuubizo y'emu ku ngeri z'okwesigibwamu." }, { "english": "Good resolutions encourage unity in society.", "luganda": "Okusalawo okulungi kuleetawo obumu mu kitundu." }, { "english": "Decide now to focus on your future.", "luganda": "Salawo kati okussa essira ku biseera byo eby'omu maaso." }, { "english": "What is your ideal workplace?", "luganda": "Kifo ki kye weegwanyiza okukoleramu?" }, { "english": "Think of a way to change his mind.", "luganda": "Lowooza ku ngeri y'okukyusa endowooza ye." }, { "english": "Never trust hypocrites.", "luganda": "Teweesiga nga bannanfuusi." }, { "english": "Passion for what you do is one key to success.", "luganda": "Obwagazi bw'ekyo ky'okola kisumuluzo kya buwanguzi." }, { "english": "Mistakes need to be amended where possible.", "luganda": "Ensobi zeetaaga okugololwa we kisoboka." }, { "english": "Age is not a limitation to those with a purpose in life.", "luganda": "Emyaka tegirina we giremeseza abo abalina omulamwa mu bulamu." }, { "english": "Everyone has a secret.", "luganda": "Buli omu alina ekyama." }, { "english": "Couples planning to get married should know a lot of things before their wedding.", "luganda": "Abaagalana abateekateeka okufumbiriganwa balina okumanya ebintu bingi nnyo nga tebannakola mbaga." }, { "english": "There is no problem admitting our mistakes.", "luganda": "Tewali buzibu okukkiriza ensobi zaffe." }, { "english": "Husband and wife ought to be faithful to each other.", "luganda": "Omwami n'omukyala balina okuba abeesimbu eri buli omu." }, { "english": "Motorcycles are cheap means of transport.", "luganda": "Ppikipiki kika kya ntambula ekya layisi." }, { "english": "Fatal accidents are due to careless road users.", "luganda": "Obubenje ddekabusa buva ku bakozesa oluguudo abalagajjavu." }, { "english": "Chaos and violence is an indicator that there are misunderstandings among people.", "luganda": "Obusambattuko n'obutabanguko kabonero nti waliwo obutategeeragana mu bantu." }, { "english": "Systems require reforms to improve.", "luganda": "Enkola zeetaaga okuzzibwa obuggya okulongooka." }, { "english": "Lockdown of cities is something that only happens at rare incidences.", "luganda": "Okuggalawo ebibuga kintu ekitatera kubaawo." }, { "english": "My colleagues at work are planning to go on strike.", "luganda": "Bannange ku mulimu beeteekateeka kugenda mu keediimo." }, { "english": "Landslides are common in mountainous areas.", "luganda": "Okubumbulukuka kw'ettaka kuli nnyo mu bifo eby'ensozi." }, { "english": "History is still a reference today.", "luganda": "Ebyayita bikyajulizibwa leero." }, { "english": "Age mates can easily get along quickly.", "luganda": "Abantu abali mu myaka gye gimu basobola okwanguyirwa okukwatagana." }, { "english": "Be grateful for all you have in life whether big or small.", "luganda": "Beera musiimu ku byonna by'olina mu bulamu ka bibe binene oba bitono." }, { "english": "We should always learn from our past mistakes.", "luganda": "Bulijjo tulina okuyigira mu nsobi zaffe ezaayita." }, { "english": "Regulations lead to proper growth.", "luganda": "Ebiragiro biviirako enkulaakulana ennungi." }, { "english": "The environment must be conserved.", "luganda": "Obutonde bw'ensi bulina okukuumibwa." }, { "english": "The food at times requires supplements to taste better.", "luganda": "Olumu emmere yeetaaga ebigenderako okusobola okuwooma." }, { "english": "To avoid regrets just always do what you love.", "luganda": "Okwewala okwejjusa bulijjo kolanga ekyo ky'oyagala." }, { "english": "Opposition rallies should be legally enforced.", "luganda": "Enkungaana z'abavuganya zirina okukolebwa mu mateeka." }, { "english": "Fathers ought to often interact with their daughters while growing up.", "luganda": "Bataata balina okwogerako ne bawala baabwe nga bakula." }, { "english": "White is a beautiful colour.", "luganda": "Langi enjeru nnungi." }, { "english": "We are recruiting top-level professionals.", "luganda": "Tuyingiza abakugu abali ku ddaala erya waggulu." }, { "english": "Every member of a team is important.", "luganda": "Buli mmemba wa ttiimu wa mugaso." }, { "english": "Home investments should be prefered.", "luganda": "Okusiga ensimbi ewaka kirina okukolebwa." }, { "english": "The officials were fired over corruption allegations.", "luganda": "Abakulu baagobebwa olw'ebigambibwa z'okulya enguzi." }, { "english": "Some people in prisons are being tortured.", "luganda": "Abantu abamu mu makomera batulugunyizibwa." }, { "english": "He was given thirty days to pay ten billion shillings to save his property.", "luganda": "Yaweereddwa ennaku asatu okusasula obuse kkumi okutaasa ebintu bye." }, { "english": "I can't wait to see his wedding day.", "luganda": "Neesunze okulaba olunaku lwe olw'embaga ye." }, { "english": "Instead of fighting rebels Sudan opted for peace talks.", "luganda": "Mu kifo ky'okulwanyisa abayeekera Sudan yasazeewo enteeseganya ez'emirembe." }, { "english": "The government gets five hundred billion shillings to construct three roads.", "luganda": "Gavumenti efuna obuse bitaano okuzimba enguudo ssaatu." }, { "english": "The wedding was cancelled after the bride and groom discovered that they were related.", "luganda": "Embaga yasaziddwamu oluvannyuma lw'omugole omusajja n'omukazi okukizuula nti baaluganda." }, { "english": "The current heavy rains are causing floods which are destroying people's property.", "luganda": "Enkuba ennyingi ennaku zino eviirako amataba agoonoona ebintu by'abantu." }, { "english": "Traffic officers stay in rain trying to direct cars in order to prevent traffic jam.", "luganda": "Abaserikale b'oku nguudo babeera mu nkuba nga bagezaako okulagirira emmotoka okusobola okuziiyiza akalippagano k'ebidduka." }, { "english": "Kampala roads flood whenever it rains heavily.", "luganda": "Enguudo za Kampala zijjula amazzi buli enkuba lw'etonnya ennyo." }, { "english": "Car accidents are common during rainy seasons.", "luganda": "Obubenje bw'emmotoka bubeera bungi mu biseera by'enkuba." }, { "english": "The bride should be mindful of her wedding dress.", "luganda": "Omugole omukyala alina okufaayo ku kiteeteeyi kye eky'embaga." }, { "english": "The lady got married at an old age.", "luganda": "Omukyala yafunbirwa ku myaka emikulu." }, { "english": "The government is not issuing national identity cards due to coronavirus.", "luganda": "Gavumenti tegaba ndagamuntu olw'akawuka ka kolona." }, { "english": "The government nowadays is trying to control what is said in the media.", "luganda": "Gavumenti ennaku zino egezaako okufuga eby'ogerebwa mu mawulire." }, { "english": "All organisations make financial reports at the end of each year.", "luganda": "Ebitongole byonna bikola alipoota z'ebyensimbi ku buli nkomerero y'omwaka." }, { "english": "Entebbe airport will be opened in October.", "luganda": "Ekisaawe ky'ennyonyi eky' Entebbe kijja kuggulwawo gw'ekkumi." }, { "english": "I have just seen the best bridal dresses in Kampala at a certain shop.", "luganda": "Naakalaba ebiteeteeyi by'obugole ebisinga obulungi mu Kampala ku dduuka erimu." }, { "english": "After the heavy rains the arcades in Kampala were flooded with water.", "luganda": "Oluvannyuma lw'enkuba ennyingi akeedi mu zajjuude amazzi." }, { "english": "Where is Uganda headed with its citizens being mistreated?", "luganda": "Uganda eraga wa n'abatuuze baayo abatulugunyizibwa?" }, { "english": "Who is the owner of the land where the church was demolished?", "luganda": "Ani nnannyini ttaka ewaamenyebwa ekkanisa?" }, { "english": "This letter was written by my young daughter.", "luganda": "Ebbaluwa eno yawandiikibwa muwala wange omuto." }, { "english": "You need somewhere to keep your clothes.", "luganda": "Weetaaga ewantu ew'okutereka engoye zo." }, { "english": "Design your house the way you want it.", "luganda": "Wunda ennyumba yo mu ngeri gy'ogyagalamu." }, { "english": "Here are the good things in using good quality construction materials.", "luganda": "Bino bye birungi ebiri mu kukozesa ebizimbisibwa eby'omutindo omulungi." }, { "english": "The compound will look nice if well designed.", "luganda": "Oluggya lujja kufaanana bulungi singa lunaawundibwa bulungi." }, { "english": "Small houses can be well organised to fix many things.", "luganda": "Ennyumba entono zisobola okutegekebwa obulungi okugyamu ebintu ebingi." }, { "english": "The president's lawyer has died at a very old age.", "luganda": "Munnamateeka wa pulezidenti afudde mukadde nnyo." }, { "english": "Teenagers are not interested in what I have to say but I have to talk to them.", "luganda": "Abatiini tebalina bwagazi mu bye nnina kwogera naye nnina okwogera nabo." }, { "english": "Marriage pressure can cause some people to hire grooms and guests for weddings.", "luganda": "Puleesa y'obufumbo esobola okuleetera abantu abamu okupangisa abagole n'abagenyi bakole embaga." }, { "english": "Working at home is going to change the way bosses perceive work.", "luganda": "Okukolera ewaka kugenda kukyusa engeri abakozesa gye balabamu emirimu." }, { "english": "Give people their money.", "luganda": "Wa bantu ssente zaabwe." }, { "english": "We need to find out why the issue is taking longer than expected.", "luganda": "Twetaaga okuzuula lwaki ensonga etwala obudde buwanvu ku bwe twasuubira." }, { "english": "Even as work is ongoing people are still celebrating.", "luganda": "Newankubadde emirimu gigenda mu maaso abantu bakyajaguza." }, { "english": "Consider the situation of people in other areas.", "luganda": "Ffaayo ku mbeera y'abantu abali mu bitundu ebirala." }, { "english": "I get sad at times by the things people do.", "luganda": "Nnakuwala ebiseera ebimu olw'ebintu abantu bye bakola." }, { "english": "They should receive rewards for a higher ranking.", "luganda": "Balina okufuna obusiimo olw'okubeera ku daala erya waggulu." }, { "english": "We are thankful for the meals provided to soldiers.", "luganda": "Tusiimye nnyo olw'emmere eweebwa abasirikale." }, { "english": "The patient was discharged from hospital last month.", "luganda": "Omulwadde yasiibulwa mu ddwaliro omwezi oguwedde." }, { "english": "Frontline health workers' salaries should be tripled.", "luganda": "Omusaala gw'abasawo abali ku mwanjo gulina okukubisibwamu emirundi esatu." }, { "english": "A lady's claim will be clarified.", "luganda": "Okwemulugunya kw'omukazi kujja kugonjoolwa." }, { "english": "There is high traffic on the toll-free lines.", "luganda": "Waliwo akalippagano k'amaanyi ku layini z'amasimu ag'obwereere.." }, { "english": "The president has appeared more than twenty times on television.", "luganda": "Pulezidenti abadde ku terefayina emirundi egisukka amakumi abiri." }, { "english": "A team delivered a consignment at the Entebbe International Airport using the Ethiopian Airlines.", "luganda": "Tiimu yawerezza ekitereke ku kisaawe ky'ennyonyi Entebbe ng'ekozesa ennyonyi ya Ethiopian Airlines." }, { "english": "We need new information sources in order to keep up to date.", "luganda": "Twetaaga ensibuko z'obubaka empya tusobole okwekuumira mu kumanya." }, { "english": "Floods have displaced several refugees.", "luganda": "Amataba gasengudde abanoonyiboobubudamu bangi." }, { "english": "Taxi operation in Kampala has been halted.", "luganda": "Okukola kwa takisi mu Kampala kuyimiriziddwa." }, { "english": "Taking over church land is not a good idea.", "luganda": "Okutwala ettaka lya kkanisa si kirowoozo kirungi." }, { "english": "During the introduction ceremonies it is important to have good songs.", "luganda": "Mu mikolo gy'okwanjula kirungi okuba n'ennyimba ennungi." }, { "english": "With my new car I can easily avoid all the traffic in Kampala.", "luganda": "N'emmotoka yange empya nsobola mangu okwewala obulippagano bwonna mu Kampala." }, { "english": "The communications company should allow us to operate freely.", "luganda": "Kkampuni y'eby'empuliziganya erina okutukkiriza okukola nga twetaaya." }, { "english": "Which car brand do you prefer?", "luganda": "Kika kya mmotoka ki ky'oyagala?" }, { "english": "The paint needs to dry first before you cover it.", "luganda": "Langi yeetaaga okusooka okukala nga tonnagibikka." }, { "english": "Let us talk to him and get the truth of the matter.", "luganda": "Ka twogere naye tufune amazima g'ensonga." }, { "english": "Why is it so difficult to find true love?", "luganda": "Lwaki kizibu nnyo okuzuula omukwano ogwannamaddala?" }, { "english": "A long-distance relationship needs a faithful partner.", "luganda": "Omukwano ogw'ewala gwetaaga omwagalwa omwesigwa." }, { "english": "I wonder why she's more open to my friend than me.", "luganda": "Neewuunya lwaki yeeyabiza nnyo mukwano gwange okusinga nze." }, { "english": "My wife constantly looks at me in the morning.", "luganda": "Mukyala wange antunuulira entakera kumakya." }, { "english": "Oil companies need to observe proper means of waste disposal.", "luganda": "Kkampuni z'amafuta zeetaaga okulaba engeri ennungi ez'okukwatamu kasasiro." }, { "english": "My neighbour narrowly survived death last night.", "luganda": "Muliraanwa wange yawonedde watono okufa ekiro kya jjo." }, { "english": "Our company gives awards to the best performers annually.", "luganda": "Kkampuni yaffe ewa ebirabo eri abakozi abasinze buli mwaka." }, { "english": "He still maintains his word despite the allegations against him.", "luganda": "Akyalemedde ku kigambo kye newankubadde waliwo ebimwogerwako." }, { "english": "There are many land wrangles in Uganda.", "luganda": "Waliwo enkaayana z'ettaka nnyingi mu Uganda." }, { "english": "It requires a good wedding planner to have a successful function.", "luganda": "Kyetaagisa omuteesiteesi w'embaga omulungi okusobola okuba n'omukolo omulungi." }, { "english": "She truly deserved the award for the best arts reporter in the country.", "luganda": "Mazima yagwanira ekirabo kya munnamawulire omusasi w'ebifaananyi asinga mu ggwanga." }, { "english": "Try him he is one of the good photographers we have around town.", "luganda": "Mugezeeko y'omu ku bakubi b'ebifaananyi abalungi be tuyina okwetoloola kibuga." }, { "english": "I would be happy to provide much information as possible.", "luganda": "Nandibadde musanyufu okuwa obubaka mu bungi bwonna obusoboka." }, { "english": "My neighbour's roof was damaged by the heavy rains.", "luganda": "Akasolya ka muliraanwa wange kaayonooneddwa enkuba ennyingi." }, { "english": "The mayor's wife encouraged us to work hard for a better future.", "luganda": "Mukyala wa mmeeya yatukubiriza okukola ennyo ku lw'ebiseera by'omu maaso ebirungi" }, { "english": "Will our friendship be damaged if you don't get that job?", "luganda": "Omukwano gwaffe gunaakosebwa singa tofuna mulimu ogwo?" }, { "english": "My grandparents also benefited from government aid last year.", "luganda": "Bajjajjange nabo baaganyulwa mu buyambi bwa gavumenti omwaka oguwedde." }, { "english": "Are all employees at your workplace offered a special training course?", "luganda": "Abakozi bonna ku mulimu gy'okolera baweebwa okutendekebwa okw'enjawulo?" }, { "english": "The family of a man who died after jumping from the lorry are speechless.", "luganda": "Famire y'omusajja eyafudde oluvannyuma lw'okubuuka ku loole ebigambo byagiweddeko." }, { "english": "Flooding caused the mine to collapse.", "luganda": "Amataba gaaviiriddeko ekirombe okugwamu." }, { "english": "It is one of the newly created cities.", "luganda": "Kye kimu ku bibuga ebiggya ebyakatondebwawo." }, { "english": "The solution to load shedding is building more dams.", "luganda": "Okugonjoola okuvaako kw'amasannyalaze kuzimba mabibiro malala." }, { "english": "I suggest you get rid of all gadgets when it's sleeping time.", "luganda": "Nteesa weggyeko ebintu byonna ebikozesa amasannyalaze mu budde bw'okwebaka." }, { "english": "It is unnecessary for one to dress excessively in order to look stylish", "luganda": "Tekyetaagisa muntu kwambala kisusse okusobola okufaanana ng'ali ku mutindo." }, { "english": "I enjoy being at work and checking to know how things are going.", "luganda": "Nyumirwa nnyo okubeera ku mulimu n'okukebera okumanya engeri ebintu gye bitambulamu." }, { "english": "It is with sorrow that we announce the death of our beloved father", "luganda": "Mu nnaku tubika taata waffe omwagalwa." }, { "english": "Sir this is the truth.", "luganda": "Ssebo gano ge mazima." }, { "english": "He worked hard for his wife's happiness.", "luganda": "Yakolerera nnyo essanyu lya mukyala we." }, { "english": "What challenges did you face during the conference?", "luganda": "Kusoomozebwa ki kwe wasanze mu lukungaana?" }, { "english": "Investigations are ongoing on the embezzlement of Coronavirus disease funds.", "luganda": "Okunoonyereza kugenda mu maaso ku kubulankanya kw'ensimbi z'ekirwadde ky'akawuka ka kolona." }, { "english": "There are families in Uganda which have only one meal per day.", "luganda": "Waliyo famire mu Uganda ezirya omulundi gumu olunaku." }, { "english": "Youths and children need daily advice from their parents and guardians.", "luganda": "Abavubuka n'abaana beetaaga okuwabulwa okwa buli lunaku okuva eri bazadde baabwe n'ababalabirira." }, { "english": "Dead bodies have been recovered after the heavy rainfall resulted in strong floods.", "luganda": "Emirambo gizuuliddwa oluvannyuma lw'enkuba eyatonnye ennyo n'ereeta amataba." }, { "english": "Any institute with proper accountability strategy is eligible for funding.", "luganda": "Ekitongole kyonna ekiyina enteekateeka y'embalirira ennungi kigwana okuvujjirirwa." }, { "english": "The government should lower the retirement age for its workers.", "luganda": "Gavumenti erina okukendeeza ku myaka gy'okuwummulirako agy'abakozi baayo." }, { "english": "Fights between brothers and sisters are common these days.", "luganda": "Okulwanagana wakati w'abooluganda abalenzi n'abawala kungi ennaku zino." }, { "english": "Please make sure that the bride and groom arrive early at church this Saturday.", "luganda": "Bambi kakasa nti omugole omusajja n'omukazi batuuka mangu ku kkanisa olwomukaaga luno." }, { "english": "Investigations show that members of the legislature earn the biggest salary amongst public servants.", "luganda": "Okunoonyereza kulaga nti ab'ekitongole ky'amateeka be basinga okufuna omusaala omungi mu bakozi ba gavumenti." }, { "english": "This the time Ugandans will decide who their leaders will be.", "luganda": "Kino kye kiseera bannayuganda we bajja okusalawo b'ani abanaabeera abakulembeze baabwe." }, { "english": "It's true that anyone can run unopposed in primaries.", "luganda": "Kituufu nti omuntu yenna asobola okuyitawo mu kamyufu nga tavuganyiziddwa" }, { "english": "In primaries you expect to win or lose.", "luganda": "Mu kamyufu olina okusuubira okuwangula oba okuwangulwa." }, { "english": "He is the longest-serving president of Uganda.", "luganda": "Ye pulezidenti wa Uganda asinze okulwako." }, { "english": "Many youths are joining political parties.", "luganda": "Abavubuka bangi beegatta ku bibiina byobufuzi." }, { "english": "Performance is key for political aspirants", "luganda": "Obukozi kya nkizo eri abeesimbawo mu byobufuzi." }, { "english": "Losing an election should be expected of a prudent candidate.", "luganda": "Okuwangulwa mu kalulu kirina okusuubirwa mu yeesimbyewo omugezi." }, { "english": "Anyone is capable of winning an election.", "luganda": "Omuntu yenna alina obusobozi obuwangula akalulu." }, { "english": "Losing an election is a shame to some contestants.", "luganda": "Okuwangulwa mu kalulu kya buswavu eri abavuganya abamu." }, { "english": "Cheating in elections must come to an end.", "luganda": "Okukumpanya mu kulonda kulina okukoma." }, { "english": "Vote rigging should be condemned in the community.", "luganda": "Okubba obululu kulina okuvumirirwa mu bitundu." }, { "english": "Free and fair elections are the joy of all political candidates.", "luganda": "Okulonda okw'amazima n'obwenkanya ly'essanyu lya buli eyeesimbyewo." }, { "english": "Violence during elections must stop.", "luganda": "Emivuyo mu biseera by'okulonda girina okukoma." }, { "english": "Engaging in national politics takes time.", "luganda": "Okwetaba mu byobufuzi by'eggwanga lyonna kutwala obudde." }, { "english": "Violent free elections are possible.", "luganda": "Okulonda okutaliimu ffujjo kusoboka." }, { "english": "Some election methods are not fair.", "luganda": "Enkola z'okulonda ezimu si za bwenkanya." }, { "english": "Every after an election candidates results are announced.", "luganda": "Buli luvannyuma lw'okulonda ebivudde mu nkulonda kw'abeesimbyewo birangirirwa." }, { "english": "The incumbent shall lose if not careful.", "luganda": "Ali mu buyinza bajja kuwangulwa bw'ateegendereze." }, { "english": "Are public rallies necessary?", "luganda": "Enkungaana z'olujjudde zeetaagisa?" }, { "english": "It is okay for one to be politically independent.", "luganda": "Tekirina buzibu omuntu kwesimbawo ku bwannamunigina." }, { "english": "Voters should be informed about elections to avoid chaos.", "luganda": "Abalonzi balina okutegeezebwa ku bikwata ku kulonda okusobola okwewala obuvuyo." }, { "english": "Village mobilisers are recruited ahead of time.", "luganda": "Abakunzi b'omu byalo balondebwa ng'obudde bukyali." }, { "english": "Do you know the roles for the member of parliament?", "luganda": "Omanyi emirimu gy'omubaka wa paalamenti?" }, { "english": "Many youths have decided to join politics in Kampala.", "luganda": "Abavukuba bangi mu Kampala basazeewo okuyingira ebyobufuzi." }, { "english": "You can not vote if you don't have the National Identity Card.", "luganda": "Tosobola kulonda nga tolina ndagamuntu." }, { "english": "Every politician needs to be knowledgeable about their constituency.", "luganda": "Buli munnabyabufuzi alina okuba ng'amanyi ebifa ku kitundu ky'akiikirira." }, { "english": "Everyone can stand for a political office as long as they have the requirements.", "luganda": "Buli muntu asobola okwesimbawo ku kifo ky'obukulembeze kasita aba ng'alina ebyetaagisa." }, { "english": "Some politicians rigged elections to become members of parliament.", "luganda": "Bannabyabufuzi abamu babba obululu okufuuka ababaka ba paalamenti." }, { "english": "Hospitals lack resources to treat patients of coronavirus.", "luganda": "Amalwaliro tegalina bikozesebwa kujjanjaba balwadde b'akawuka ka kolona." }, { "english": "The ruling party strongly believes that they are going to win the upcoming elections.", "luganda": "Ekibiina ekiri mu buyinza kirina okukkiriza nti bajja kuwangula okulonda okujja." }, { "english": "During elections candidates spend more money on people to try and get their votes.", "luganda": "Mu biseera by'okulonda abeesimbyewo basaasaanya ssente nyingi mu bantu okugezaako okufuna obululu bwabwe." }, { "english": "People in Entebbe did not turn up for youth elections.", "luganda": "Abantu b' Entebbe tebajjumbira kulonda kw'abavubuka." }, { "english": "Current ministers are losing in the party elections.", "luganda": "Baminisita abaliko bawangulwa mu kulonda kw'ebibiina." }, { "english": "Politicians hire many village people to look for votes.", "luganda": "Bannabyabufuzi bapangisa bannakyalo bangi okunoonya obululu." }, { "english": "Politicians tell a lot of lies during campaigns.", "luganda": "Bannabyabufuzi balimba nnyo mu biseera by'okunoonya obululu." }, { "english": "Many secrets get revealed during campaigns.", "luganda": "Ebyama bingi byogerebwa mu biseera by'okunoonya obululu." }, { "english": "Chaos erupted when the chairman of electoral commission announced two winners for the same position.", "luganda": "Akavuyo kaabalukawo ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda bwe yalangirira abawanguzi babiri ku kifo kimu." }, { "english": "Shots were fired during the political party elections.", "luganda": "Amasasi gaavuga mu kulonda kw'ekibiina ky'ebyobufuzi." }, { "english": "The least supported party in Ugandan also wants to participate in the upcoming elections.", "luganda": "Ekibiina ekisinga obuwagizi obutono mu Uganda nakyo kyagala kwetaba mu kulonda okujja." }, { "english": "The members of parliament also have to go for nominations.", "luganda": "Abakiise mu lukiiko lw'eggwanga olukulu nabo balina okugenda okusunsulwa." }, { "english": "The ruling party is ready to compete in the upcoming elections.", "luganda": "Ekibiina ekiri mu buyinza kyeteefuteefu okuvuganya mu kulonda okujja." }, { "english": "The president observed the chaos in the party elections.", "luganda": "Pulezidenti yeetegerezza obuvuyo mu kulonda kw'ekibiina." }, { "english": "Many of the current member of parliaments lost in their party elections.", "luganda": "Bangi ku bakiise abali mu paalamenti baawangulwa mu kulonda kw'ekibiina kyabwe." }, { "english": "Nowadays people go in for politics because they want a good salary.", "luganda": "Ennaku zino abantu bagenda mu byobufuzi kubanga baagala omusaala omulungi." }, { "english": "Here are the political aspirants from the different parts of the country.", "luganda": "Bano be beesimbyewo okuva mu bintundu by'eggwanga eby'enjawulo." }, { "english": "Election malpractice is on the increase in that district.", "luganda": "Emivuyo mu kulonda gyeyongera mu disitulikiti eyo." }, { "english": "The supporters protested over the women member of parliament results.", "luganda": "Abawagizi beekalakaasa oluvannyuma lw'ebyava mu kulonda kw'omukiise omukyala." }, { "english": "The mayoral seat elections have only the youth.", "luganda": "Okulonda kw'entebe y'obwa mmeeya eriko bavubuka bokka." }, { "english": "Mayor elections will be carried out tomorrow.", "luganda": "Okulonda kwa mmeeya kujja kubaawo enkya." }, { "english": "Elections have to always be free and fair.", "luganda": "Okulonda bulijjo kulina kuba kwa mazima na bwenkanya." }, { "english": "The confusion in the elections has left me wondering if we have the best leaders.", "luganda": "Okubuzaabuzibwa mu kulonda kundese neewuunya oba nga tulina abakulembeze abalungi." }, { "english": "A man is competing against his daughter in the general elections.", "luganda": "Omusajja avuganya muwala we mu kulonda kwa bonna." }, { "english": "Voter bribery is not a good thing.", "luganda": "Okugulirira balonzi si kirungi" }, { "english": "Election results are supposed to be announced as soon as possible.", "luganda": "Ebivudde mu kulonda biteekeddwa okulangirirwa amangu ddala nga bwe kisoboka." }, { "english": "It requires unity within the party to win an election.", "luganda": "Kyetaagisa obumu mu kibiina okuwangula akalulu." }, { "english": "It is fair to give new candidates a chance to represent their parties.", "luganda": "Kiba kya bwenkanya okuwa abeesimbyewo abaggya omukisa okukiikirira ebibiina byabwe." }, { "english": "It has now become usual for politicians to conflict over positions.", "luganda": "Kati kifuuse kya bulijjo bannabyabufuzi okukuubagana ku bifo." }, { "english": "In their region the mayoral seat has attracted four aspirants.", "luganda": "Mu kitundu kyabwe entebe y'obwammeeya yeesimbiddwako abantu bana." }, { "english": "We didn't vote because of failure to supply ballots at the polling station in our area.", "luganda": "Tetwalonda olw'okulerererwa kutuusa obukonge mu kifo awalonderwa mu budde." }, { "english": "Our city mayor collapsed after he lost to his opponent.", "luganda": "Meeya w'ekibuga kyaffe yazirika oluvannyuma lw'okuwangulwa amuvuganya." }, { "english": "I didn't vote because my name did not appear on the voters' register.", "luganda": "Saalonda kubanga erinnya lyange teryalabikira mu lukalala lw'abalonzi." }, { "english": "You should enter politics to serve not to exploit.", "luganda": "Olina okuyingira ebyobufuzi kuweereza sso si kunyuunyuuta." }, { "english": "l wonder why there is too much nepotism in the politics of our country.", "luganda": "Neewuunya lwaki waliwo obusosoze bungi mu byobufuzi by'eggwanga lyaffe." }, { "english": "He asked us to go to the polling place and act as his poll watchers.", "luganda": "Yatusaba okugenda awalonderwa tukole ng'abalondoozi be ab'okulonda." }, { "english": "After declaring her the winner she threw a victory party right away.", "luganda": "Oluvannyuma lw'okumulangirira ng'omuwanguzi yategekerawo akabaga ak'obuwanguzi." }, { "english": "There wasn't any kind of violence in elections at our home village.", "luganda": "Tewaaliwo ffujjo lyonna mu kulonda ku kyalo kyaffe." }, { "english": "One of the supporters was severely injured while jubilating his win.", "luganda": "Omu ku bawagizi yakosebwa nnyo bwe yali ajaguza obuwanguzi bwe." }, { "english": "A given section of Ugandans has violated the voting guidelines this year.", "luganda": "Bannayuganda abamu bavvodde ebiragiro by'okulonda omwaka guno." }, { "english": "The contestants have not agreed with the results declared in the elections.", "luganda": "Abavuganya tebakkiriziganya n'ebyavudde mu kulonda ebyalangiriddwa." }, { "english": "His popularity made him a successful politician in the country.", "luganda": "Obumanyifu bwe bwamufuula munnabyabufuzi ow'amaanyi mu ggwanga." }, { "english": "He retained the card for the party flag bearer for the upcoming general elections", "luganda": "Yasigaza kkaadi y'okukwatira ekibiina bendera mu kulonda kwa bonna okujja." }, { "english": "Journalists have been urged to cover the coming elections without fear.", "luganda": "Bannamawulire basabiddwa okulondoola okulonda okujja awati kutya." }, { "english": "Small voter involvement in the district and mayoral polls is attributed to no campaigns.", "luganda": "Obwetabi bw'abalonzi abatono mu disitulikiti n'okulonda okw'obwa mmeeya kyesigamiziddwa ku butanoonya bululu." }, { "english": "Violence in elections can be caused by a number of unlawful acts.", "luganda": "Obutabanguko mu okulonda busobola okuleetebwa ebikolwa bingi ebitali mu mateeka." }, { "english": "The leaders have come together to develop their nations.", "luganda": "Abakulembeze beegasse wamu okukulaakulanya amawanga gaabwe." }, { "english": "Political parties should evaluate themselves to improve.", "luganda": "Ebibiina by'ebyobufuzi birina okwekubamu ttooki okwetereeza." }, { "english": "That political party has lost its value.", "luganda": "Ekibiina ky'ebyobufuzi ekyo kiweddemu ensa." }, { "english": "Every politician is trying to gain support because of the upcoming elections.", "luganda": "Buli munnabyabufuzi agezaako okunoonya obuwagizi olw'okulonda okujja." }, { "english": "We are in the last week of campaigns for presidential elections.", "luganda": "Tuli mu wiiki esembayo ey'okunoonya akalulu k'obwa pulezidenti." }, { "english": "This election race is between the two prominent families in Kasubi.", "luganda": "Okuvuganya kw'okulonda kuno kuli wakati wa famire ebbiri ez'amaanyi mu Kasubi." }, { "english": "The two opposition candidates are working on a coalition before the national elections.", "luganda": "Abeesimbyewo biri abali ku ludda oluvuganya bali mu nteesaganya y'okwegatta ng'okulonda tekunnatuuka." }, { "english": "A tight parliamentary race in the East is normally characterised with the violation of the law", "luganda": "Okuvuganya okw'amaanyi ku bubaka bwa paalamenti mu buvanjuba kutera okubeeramu okumenya amateeka." }, { "english": "Enrolment of unproven people into politics by the president will break the ruling party.", "luganda": "Pulezidenti okuyingiza abantu abatakakasiddwa mu byobufuzi kijja kusuula ekibiina ekiri mu buyinza." }, { "english": "Former members of Cabinet are in the race to become members of parliament.", "luganda": "Abaaliko bammemba ba kabinenti bali mu kuvuganya kufuuka babaka ba paalamenti." }, { "english": "With a few resources teachers continue delivering exciting and effective lessons.", "luganda": "N'ebyokukozesa ebitono abasomesa bakyagenda mu maaso n'okusomesa mu ngeri ennyuvu era ennungi." }, { "english": "As athletics fans we are proud to have the fastest runner from our country.", "luganda": "Nga abanyumirwa emisinde twenyumiriza mu kubeera n'omuddusi asinga okuva mu nsi yaffe." }, { "english": "I salute to our nation!", "luganda": "Nteekamu ekitiibwa ensi yaffe!" }, { "english": "This day is celebrated on October ninth of every year.", "luganda": "Olunaku luno lukuzibwa nga mwenda ogwekkumi buli mwaka." }, { "english": "She is anxiously waiting for the release of the results.", "luganda": "Yeesunze okufulumizibwa kw'ebyavuddemu." }, { "english": "The headteacher was awarded a token of appreciation.", "luganda": "Omukulu w'essomero yaweereddwa akalabo okumwebaza." }, { "english": "After the announcement of her results she collapsed.", "luganda": "Oluvannyuma lw'okulangirira ebyavuddemu bye yazirise." }, { "english": "The minister gives tokens of appreciation to the best teachers every year.", "luganda": "Minisita awa obulabo bw'okwebaza eri omusomesa abeera asinze buli mwaka." }, { "english": "Poverty is one of the reasons that led to child marriage.", "luganda": "Obwavu y'emu ku nsonga eziviirako abaana okufumbirwa." }, { "english": "It is good to improve skills and promote the talents of the girl child.", "luganda": "Kirungi okwongera ku bukugu n'okukulaakulanya ebitone by'omwana omuwala." }, { "english": "Our teachers who put in more efforts in teaching learners were greatly rewarded.", "luganda": "Abasomesa baffe abateekamu ennyo amaanyi mu kusomesa abayizi baasiimiddwa nnyo." }, { "english": "Good luck to all candidates.", "luganda": "Mikisa myereere eri bakandidetisi bonna." }, { "english": "She handed in incomplete documents which led to the rejection of her loan application.", "luganda": "Yawaddeyo empapula ezitawera ekyaviiriddeko okugaana okusaba kwe okwa looni." }, { "english": "Uganda Cranes are warming up for a match with Burundi.", "luganda": "Ttiimu y'eggwanga ey'omupiira gw'ebigere yeetegekera mupiira ne burundi." }, { "english": "District officers are ready to provide free services to the needy.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti beetegefu okuwa obuweereza obw'obwereere eri abeetaavu." }, { "english": "The teachers should attend to the learner's needs equally.", "luganda": "Abasomesa balina okufa ku byetaago by'abayizi kyenkanyi." }, { "english": "Immunisation is important to prevent the killer diseases.", "luganda": "Okugema kwa mugaso okutangira endwadde zi nnamutta." }, { "english": "Early childhood centres should emphasize reading skills.", "luganda": "Amasomero g'abaana abato galina okussa essira ku bukugu mu kusoma." }, { "english": "There is a new way of checking learners academic progress.", "luganda": "Waliwo engeri empya ey'okukebera ku nsoma y'abayizi." }, { "english": "Ugandans are happy for the achievement of their football team.", "luganda": "Bannayuganda basanyufu olw'obuwanguzi obutuukiddwako ttiimu yaabwe ey'omupiira gw'ebigere." }, { "english": "The ministry should improve supervision to uplift the standard of public schools.", "luganda": "Minisitule erina okwongera ku kulambula amasomero ga gavumenti okusobola okutumbula omutindo gwago." }, { "english": "Parents have offered five water dispensers to boost hygiene in the school.", "luganda": "Abazadde bawaddeyo disipensa z'amazzi ttaano okutumbula obuyonjo mu ssomero." }, { "english": "Officials have given opening remarks for a two days education conference.", "luganda": "Abakungu bawadde obubaka obuggulawo olukiiko lw'ebyensoma olw'ennaku ebbiri." }, { "english": "Educational institutions should put more emphasis on practical education and skills.", "luganda": "Amasomero galina okuteeka essira ku masomo g'emikono n'obukugu." }, { "english": "The minister is determined to improve the education system.", "luganda": "Minisita mumalirivu okutumbula ebyensoma." }, { "english": "Candidates have received guidelines for their final examinations.", "luganda": "Abayizi abali mu bibiina eby'akamalirizo bafunye okulambikibwa mu bigezo byabwe eby'akamalirizo." }, { "english": "Schools have been urged to put the new curriculum into practice.", "luganda": "Amasomero gasabiddwa okuteeka mu nkola enteekateeka y'ebisomesebwa empya." }, { "english": "The minister has awarded the best teachers in the country.", "luganda": "Minisita awadde abasomesa abasinga mu ggwanga ebirabo." }, { "english": "The Rugby Cranes are one of the best teams in the tournament.", "luganda": "Ttiimu y'eggwanga eya lagibe y'emu ku ttiimu ezisinga mu mpaka." }, { "english": "City authorities urge schools to support children's talents.", "luganda": "Aboobuyinza mu kibuga basaba amasomero okuyambako mu kutumbula ebitone by'abaana." }, { "english": "Performing arts has been boosted in schools.", "luganda": "Ebitone bitumbuddwa mu masomero." }, { "english": "Namboole stadium is the Uganda cranes official home ground.", "luganda": "Ekisaawe ky'e Namboole ge maka amatongole aga ttiimu ya Uganda cranes." }, { "english": "The rugby team has qualified for many international tournaments.", "luganda": "Ttiimu ya lagibe eyiseemu okuzannya mu mpaka z'ensi yonna nnyingi." }, { "english": "The government has established new classroom blocks to public schools in Kampala.", "luganda": "Gavumenti ezimbye ebibiina ebipya mu masomero ga gavumenti mu Kampala." }, { "english": "Schools have employed quality teachers to improve results.", "luganda": "Amasomero gawadde abasomesa abatendeke emirimu okwongera ku bubonero." }, { "english": "Parents have agreed to support schools in nurturing the learners during holidays.", "luganda": "Abazadde bakkirizza okuyambako amasomero mu kugunjula abaana mu luwummula." }, { "english": "Nigeria lost four to one to Uganda in the African national championship.", "luganda": "Nigeria yawanguddwa Uganda nnya ku emu mu mpaka African national championship." }, { "english": "Uganda football players are admired by international club players.", "luganda": "Abasambi b'omupiira mu Uganda beegombebwa abazannyi ba ttiimu zi nnaggwedda." }, { "english": "The team displayed good football skills in the tournament.", "luganda": "Ttiimu yayolesezza obukodyo bw'omupiira obulungi mu mpaka." }, { "english": "The football players have awarded the best players for the season.", "luganda": "Abasambi b'omupiira bawadde omusambi asinze okusamba omupiira ekirabo mu sizoni." }, { "english": "Sexual violence affects both girls and boys in schools.", "luganda": "Okukuluusanyizibwa mu by'okwegatta kikosa abawala n'abalenzi mu masomero." }, { "english": "We are proud to have the fastest runner in our country.", "luganda": "Twenyumiriza mu kubeera n'omuddusi asinga mu nsi yaffe." }, { "english": "He has won the race again.", "luganda": "Azzeemu okuwangula empaka." }, { "english": "Despite the heavy rains they continued with the running competition", "luganda": "Newankubadde yatonnye nnyo beeyongeddeyo n'empaka z'okudduka." }, { "english": "Their team won the football championship.", "luganda": "Ttiimu yaabwe yawangudde empaka z'omupiira gw'ebigere." }, { "english": "Such people should be respected in the soccer world.", "luganda": "Abantu ng'abo balina okuweebwa ekitiibwa mu nsi y'omupiira." }, { "english": "My daughter has been awarded a scholarship because of her very good performance.", "luganda": "Muwala wange aweereddwa sikaala olw'okusoma obulungi ennyo." }, { "english": "The minister has allowed foreigners to invest in the education instructions of Uganda.", "luganda": "Minisita akkiriza abagwira okusiga ensimbi mu masomero ga Uganda." }, { "english": "Is it true that she bribed student voters to vote for her?", "luganda": "Kituufu nti yawa abayizi abalonzi enguzi okumulonda?" }, { "english": "My daughter is contesting for the post of the head girl at her school.", "luganda": "Muwala wange avuganya ku kifo ky'okukulembera abawala ku ssomero lye." }, { "english": "I thank you for being part of us this year.", "luganda": "Nkwebaza okubeera ekitundu ku ffe omwaka guno." }, { "english": "I come from the pearl of Africa", "luganda": "Nva mu kkula lya Africa" }, { "english": "We should be cautious before we get involved", "luganda": "Tulina okuba abeegendereza nga tetunnabyegattamu" }, { "english": "Relevant states were represented by different personnel", "luganda": "Ensi ezeetaagisa zaakiikiriddwa abantu ab'enjawulo" }, { "english": "The chief justice ensured the smooth running of the appointment", "luganda": "Ssaabalamuzi yafuba okutambuza obulungi emirimu gye" }, { "english": "A leader was appointed", "luganda": "Omukulembeze yalondeddwa" }, { "english": "This is my responsibility as the President of Uganda", "luganda": "Buno buvunaanyizibwa bwange nga pulezidenti wa Uganda" }, { "english": "We should work hand in hand with member states to ensure economic development", "luganda": "Tulina okukolaganira awamu n'ensi zinnaffe tusobole okukulaakulana mu byenfuna" }, { "english": "East African states should be integrated with clear goals and objective", "luganda": "Ensi za East Africa zirina okwegatta n'ebiruubiriwa wamu n'ekigendererwa ebirambulukufu." }, { "english": "The pandemic would have run out of control but we managed to coerce it", "luganda": "Ekirwadde bunnansi kyanditulemye okutangira naye twasobola okukirwanysa." }, { "english": "We thank the schools which have joined the fight against the pandemic", "luganda": "Twebaza amasomero ageegasse ku kulwanyisa ekirwadde bbunansi." }, { "english": "The auditor general will inspect the products distributed to ensure its quality product", "luganda": "Omubalirizi wa gavumenti ajja kulondoola ebintu ebigabibwa okukakasa omutindo gwabyo." }, { "english": "They are greedy and selfish people", "luganda": "Bantu baluvu era tebaagaliza." }, { "english": "Those who spent money wisely on our people should be commended", "luganda": "Abo abaasaasaanya obulungi ensimbi ku bantu baffe balina okutenderezebwa." }, { "english": "Let us work together to defeat this challenge with collective efforts.", "luganda": "Ka tukolere wamu okulwanyisa okusoomoozebwa kuno." }, { "english": "Ugandans are very strong people", "luganda": "Bannayuganda bantu bagumu nnyo" }, { "english": "People have greed for money which will make them lose a life", "luganda": "Abantu baluvu ku ssente ekijja okubaleetera okufiirwa obulamu" }, { "english": "Leaders should be responsible and enhance service provision", "luganda": "Abakulembeze balina okubeera n'obuvunaanyizibwa n'okwongera ku buweereza." }, { "english": "Quality food should be distributed in a proper way without contamination", "luganda": "Emmere ennungi y'erina okugabibwa mu ngeri ennungi nga teyonoonese." }, { "english": "We need to put in place proper mechanisms and food will be brought on the door", "luganda": "Tulina okuteekawo enkola ennambulukufu era emmere ejja ku leetebwa ku luggi." }, { "english": "The money should be spent on our people and not greedy politicians", "luganda": "Ssenti zirina kusaasaanyizibwa ku bantu baffe si ku bannabyabufuzi abaluvu." }, { "english": "It is one of the few schools I went to in my high school days", "luganda": "Lye limu ku masomero amatono ge nnasomerako mu sekendule." }, { "english": "That is where I came from", "luganda": "Eyo gye nva." }, { "english": "I was at Ntale one year before independence", "luganda": "Nali Ntale omwaka gumu nga tetunnafuna bwetwaze" }, { "english": "They have been able to control this pandemic", "luganda": "Basobodde okutangira ekiwadde kino bbunansi" }, { "english": "The medical staff and engineers are important in our Ugandan setting", "luganda": "Abasawo ne bayinginiya baamugaso mu ntekateeka ya Uganda yaffe." }, { "english": "We bought it for road construction", "luganda": "Twakigula kuzimba luguudo." }, { "english": "The machinery imported from Japan helped us to handle the situation", "luganda": "Ebyuma ebyaggibwa e Japan byatuyamba okutereeza embeera." }, { "english": "They effortlessly sacrificed and put their lives at risk", "luganda": "Beewaayo obuteemalira ne bateeka obulamu bwabwe mu katyabaga" }, { "english": "The revolutionaries did a very fantastic job for the country", "luganda": "Bannankyukakyuka baakolera eggwanga omulimu ogw'ettendo." }, { "english": "Let us wait and see what happens", "luganda": "Ka tulinde tulabe ki ekiddako" }, { "english": "This kind of behaviour is completely disallowed and unlawful", "luganda": "Ekika ky'empisa kino tekikkirizibwa era tekiri mu mateeka." }, { "english": "The district can allocate funds accurately unlike these selfish individuals", "luganda": "Disitulikiti esobola okugabanya obulungi ssente ekitali ku bantu bano abeeyagaliza bokka." }, { "english": "The task force should work hand in hand with the police", "luganda": "Akakiiko akadduukirize kalina okukolagana ne poliisi." }, { "english": "The district task force should be in charge of distribution and resource allocation", "luganda": "Akakiiko ka disitulikiti akadduukirize ke kalina okuvunaanyizibwa ku kubunyisa n'okugaba ebintu." }, { "english": "The finances should be refunded", "luganda": "Ssente zirina okukomezebwawo." }, { "english": "The money should never have been rebated", "luganda": "Ssente tezirina kutoolebwako." }, { "english": "Let us not relax people we can fight off the coronavirus", "luganda": "Abantu tuleme kugayaala tusobola okulwanyisa akawuka ka kolona." }, { "english": "The auditor general will have to inspect the expenditures", "luganda": "Omubalirizi wa gavumenti ajja kulondoola ensaasaanya." }, { "english": "We cannot tolerate improper behaviour", "luganda": "Tetusobola kukkiriza mpisa mbi" }, { "english": "They should be commended for being selfless", "luganda": "Balina okusuutibwa olw'okufaayo ku balala" }, { "english": "Their good work was reflected in these difficult times", "luganda": "Omulimu gwabwe omulungi gweyolekera mu biseera ebyo ebizibu." }, { "english": "They were saving lives", "luganda": "Baali bataasa bulamu" }, { "english": "He appreciated their good work", "luganda": "Yasiimye omulimu gwabwe omulungi." }, { "english": "He wanted to understand their problems", "luganda": "Yayagadde okutegeera ebizibu byabwe." }, { "english": "They do the work that no one can be able to do", "luganda": "Bakola omulimu omuntu omulala yenna gw'atasobola kukola." }, { "english": "They need to be motivated", "luganda": "Beetaaga okuzzaamu amaanyi" }, { "english": "Health workers have done a very good job", "luganda": "Abasawo bakoze omulimu omulungi ennyo" }, { "english": "They are extensively living a good life", "luganda": "Babeerera ddala mu bulamu obulungi ennyo" }, { "english": "Politicians should never distribute food but should be part of the task force", "luganda": "Bannabyabufuzi tebalina kugaba mmere naye balina okuba ku kakiiko akadduukirize." }, { "english": "The auditor general will monitor the allocation of funds", "luganda": "Omubalirizi wa gavumenti ajja kulondoola engabanya y'ensimbi." }, { "english": "They will be part of the task force since they know problems better", "luganda": "Bajja kuba kitundu ku kakiiko akadduukirize kubanga bamanyi bulungi ebizibu." }, { "english": "On orders from above the district task force had to control the situation", "luganda": "Ku kiragiro ekiva waggulu akakiiko ka disitulikiti akadduukirize kaalina okutereeza embeera." }, { "english": "We then tried to make sure things are done in the right way", "luganda": "Oluvannyuma twagezezzaako okukakasa ng'ebintu bikolebwa mu ngeri entuufu." }, { "english": "The local politicians tried to engage in food distribution.", "luganda": "Bannabyabufuzi ba kuno baagezaako okwenyigira mu kugaba emmere." }, { "english": "The district task force was in charge of handling the situation", "luganda": "Akakiiko ka disitulikiti akadduukirize kaalina obuvunaanyizibwa okutereeza embeera." }, { "english": "The finances were for service provision", "luganda": "Ssente zaali za kutuusa buweereza." }, { "english": "We had to release the money to do its cause", "luganda": "Twayina okuta ssente zikole omulimu gwazo." }, { "english": "The money had to be spent rightly", "luganda": "Ssente zaalina okusaasaanyizibwa mu obulungi." }, { "english": "There will be a friendly match between the two teams", "luganda": "Wajja kubaawo omupiira ogw'omukwano wakati wa ttiimu ebbiri." }, { "english": "Teachers should be highly appreciated for the efforts they put in to mentor us.", "luganda": "Abasomesa balina okusiimibwa ennyo olw'amaanyi ge bateekamu okutulambika." }, { "english": "We thank our teachers for the creative ideas they bring up while helping us to learn.", "luganda": "Twebaza abasomesa baffe olw'ebirowoozo eby'ekikujjukujju bye baleeta nga batuyamba okuyiga." }, { "english": "More income should be invested in the education sector of our country.", "luganda": "Ssente ennyingi zirina okuteekebwa mu by'enjigiriza by'eggwanga lyaffe." }, { "english": "She is the best teacher I have known since childhood.", "luganda": "Ye musomesa asinga gwe mmanyi okuva mu buto." }, { "english": "On teachers day they were cautioned to love their students like their own.", "luganda": "Ku lunaku lw'abasomesa baakubirizibwa okwagala abayizi baabwe nga abaabwe." }, { "english": "All teachers in our school were awarded tokens for being innovative.", "luganda": "Abasomesa bonna mu ssomero lyaffe baaweereddwa obulabo olw'okubeera abayiiya." }, { "english": "They were urged to encourage children to participate in classroom activities.", "luganda": "Baasabiddwa okukubiriza abaana okwenyigira mu ebyo ebikolebwa mu kibiina." }, { "english": "She participated in all the outdoor games.", "luganda": "Yeetaba mu mizannyo gyonna egizannyibwa wabweru." }, { "english": "She empowered girls and women to fight against the problem of gender inequality.", "luganda": "Yawa abawala n'abakyala amaanyi okulwanyisa obuzibu bw'okunyoomebwa okusinziira ku kikula." }, { "english": "They proved to them that they can do anything boys can do.", "luganda": "Baabakakasa nti basobola okukola ekintu kyonna abalenzi kye bakola." }, { "english": "He realized that there is value in hard work.", "luganda": "Yakizuula nti okukola ennyo kirimu omuwendo." }, { "english": "Is it right for a teacher to set high expectations for her students?", "luganda": "Kituufu omusomesa okuteerawo abayizi be ebisuubirwa ebya waggulu?" }, { "english": "He was the best teacher and we strongly relied on him.", "luganda": "Ye musomesa eyali asinga era twamwesigamako nnyo." }, { "english": "Mathematics will help her develop logical and critical thinking.", "luganda": "Okubala kujja kumuyamba okuyiga okulowooza n'okufumiitiriza ennyo." }, { "english": "The government equipped all schools with the materials to help learners pass their exams.", "luganda": "Gavumenti yawadde amasomero gonna ebikozesebwa okuyambako abayizi okuyita ebigezo byabwe." }, { "english": "All candidate students are expected at school by end of next week.", "luganda": "Abayizi abali mu bibiina eby'akamalirizo basuubirwa okuba ku ssomero ku nkomerero ya wiiki." }, { "english": "Women nowadays are greatly participating in sports", "luganda": "Abakyala ennaku zino beenyigidde nnyo mu byemizannyo" }, { "english": "All our children reported back to school as soon as the term began.", "luganda": "Abaana baffe bonna baakomyewo ku ssomero amangu ddala ng'olusoma lugguddewo." }, { "english": "It's good to boost children's talents right from childhood.", "luganda": "Kirungi okutumbula ebitone by'abaana okuva mu buto." }, { "english": "She should remain calm all times even if the children have annoyed her.", "luganda": "Alina okusigala nga mukakkamu obudde bwonna abaana ne bwe bamunyiiza." }, { "english": "Teachers in my school were encouraged to laugh with their students.", "luganda": "Abasomesa mu ssomero lyange baakubirizibwanga okuseka n'abayizi baabwe." }, { "english": "Does a midwife have to be a nurse?", "luganda": "Omuzaalisa alina okubeera omusawo?" }, { "english": "My mother received a short term school fees loan from that bank.", "luganda": "Maama wange yeewoze looni y'ebisale by'essomero ey'ebbanga ettono okuva mu bbanka." }, { "english": "They should allow children to express their thoughts and ideas.", "luganda": "Balina okukkiriza abaana okwasanguza ebirowoozo byabwe." }, { "english": "She is a great nurse and I am grateful for her.", "luganda": "Musawo mulungi era mwenyumirizaamu." }, { "english": "There should be an improvement in health service delivery.", "luganda": "Walina okubaawo okulinnyisa ku mutindo gw'ebyobujjanjabi." }, { "english": "The results showed that girls dominated boys in the final exams.", "luganda": "Ebyavudde byalaze nti abawala baasinze abalenzi." }, { "english": "They were encouraged to make timely repayments.", "luganda": "Baakubirizibwa okusasulanga mu budde." }, { "english": "They should pay attention to the strength and limitations of each of the student.", "luganda": "Balina okufaayo ku maanyi ne ku bunafu bwa buli muyizi." }, { "english": "Children learn well in a peaceful school environment.", "luganda": "Abaana basoma bulungi mu mbeera y'essomero ewa emirembe." }, { "english": "Learners shouldn't be discriminated in schools according to their performance.", "luganda": "Abayizi tebalina okusosolwa mu masomero okusinziira ku nsoma yaabwe." }, { "english": "Is it right to force an underage girl into marriage?", "luganda": "Kituufu okukaka omuwala atanneetuuka okufumbirwa?" }, { "english": "Violence can highly be reduced through curriculum-based activities.", "luganda": "Obutabanguko busobola kumalibwawo ddala okuyita mu nteekateeka y'ebisomesebwa." }, { "english": "Every child has a right to basic needs.", "luganda": "Buli mwana alina eddembe okuweebwa ebyetaago." }, { "english": "There should be no discrimination in schools among children.", "luganda": "Tewalina kubaawo kusosola mu baana mu masomero." }, { "english": "All students schools and parents have an important role in promoting school safety", "luganda": "Abayizi bonna amasomero n'abazadde balina omulimu ogw'enkizo mu kukuuma amasomero" }, { "english": "They should find ways of meeting the learning needs of students.", "luganda": "Balina okunoonya engeri z'okutuukiriza ebyetaago by'abayizi." }, { "english": "Community is to also involve in child protection.", "luganda": "Abantu nabo balina okwenyigira mu kukuuma abaana." }, { "english": "The coaches did a great job of preparing the team.", "luganda": "Abatendesi baakoze omulimu omulungi okuteekateeka ttiimu." }, { "english": "It needs commitment to fulfil a task.", "luganda": "Kyetaaga obumalirivu okumaliriza omulimu." }, { "english": "Teachers inspire and encourage us to strive for greatness.", "luganda": "Abasomesa batulungamya n'okutukubiriza okutuuka ku binene." }, { "english": "Ugandans are overjoyed with the victory of their fastest runners.", "luganda": "Bannayuganda basanyufu nnyo olw'obuwanguzi bw'omuddusi waabwe asinga." }, { "english": "He gives more energy to the pupils.", "luganda": "Awa nnyo abayizi amaanyi." }, { "english": "Teachers help in preparing for the road ahead in our lives.", "luganda": "Abasomesa bayamba mu kuteekateeka olugendo mu bulamu bwaffe eby'omu maaso." }, { "english": "It is the teacher that makes the difference not the classroom.", "luganda": "Musomesa y'akolawo enjawulo si kibiina." }, { "english": "The minister said teachers sacrifices don't go unnoticed.", "luganda": "Minisita yagamba kwewaayo kw'abasomesa tekugenda nga tekutegeerekeseeko." }, { "english": "Our mathematics teacher inspired us to do better.", "luganda": "Omusomesa waffe ow'okubala yatuzzaamu amaanyi okukola obulungiko." }, { "english": "My teacher thank you for making me a good human being.", "luganda": "Musomesa wange weebale okunfuula omuntu omulungi." }, { "english": "We have to rectify the mistakes that we made", "luganda": "Tulina okutereeza ensobi ze twakola" }, { "english": "We are in an extremely difficult situation", "luganda": "Tuli mu kaseera akazibu ennyo ddala" }, { "english": "It is the ruling party in Uganda", "luganda": "Kye kibiina ekiri mu buyinza mu Uganda" }, { "english": "We shall employ the necessary people to strategize", "luganda": "Tujja kussaako abantu abeetaagisa okutema empenda" }, { "english": "We have to look for remedies", "luganda": "Tuyina okunoonya eky'okukola okutereeza embeera." }, { "english": "It cannot sustain its activities in difficult times like wars", "luganda": "Tesobola kuyimirizaawo mirimu gy'ayo mu biseera ebizibu ng'entalo." }, { "english": "It mostly depends on foreigners", "luganda": "Esinga kwesigama ku bagwira" }, { "english": "The tourism sector faces a number of challenges as they lack capital", "luganda": "Ebyobulambuzi bisanga okusoomozebwa nga bibulwa ensimbi" }, { "english": "Food runs the lives of people in every situation", "luganda": "Emmere etambuza obulamu bw'abantu mu mbeera yonna" }, { "english": "Food security is key to a better economy", "luganda": "Okubeera n'emmere kya nkizo mu byenfuna ebirungi." }, { "english": "We had a better increase in income per capita", "luganda": "Twafuna okwoyongera mu mugatte gw'ensimbi eziyingizibwa buli muntu." }, { "english": "There is high milk production in Kenya", "luganda": "Waliyo enfulumya y'amata amangi mu Kenya" }, { "english": "There is high consumption of milk products", "luganda": "Ebintu ebiva mu mata byettanirwa nnyo." }, { "english": "The problem is about high production and low consumption", "luganda": "Obuzibu buli ku kufulumya nnyo ng'obwetaavu butono." }, { "english": "It is rich in a lot of minerals and it is part of proteins foods", "luganda": "Mulimu ebirungo bingi era kitundu ku mmere ezimba omubiri" }, { "english": "They are needed by local manufacturing companies to sustain production", "luganda": "Byetaagibwa amakolero g'omunda mu ggwanga okuyimirizaawo emirimu." }, { "english": "Eggs have no market this time around", "luganda": "Amagi tegalina katale omulundi guno." }, { "english": "Many other products are available on the market", "luganda": "Ebintu ebirala bingi weebiri ku katale" }, { "english": "Hotels were closed because of the pandemic", "luganda": "Amawooteeri gaggalwa olw'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "There is low agricultural output", "luganda": "Amakungula g'abalimi n'abalunzi matono." }, { "english": "There is a high demand for coffee", "luganda": "Obwetaavu bw'emmwanyi bungi." }, { "english": "People are now protective of themselves", "luganda": "Abantu kati beekuuma" }, { "english": "They are thinking about us", "luganda": "Batulowoozaako" }, { "english": "We were able to meet at last", "luganda": "Twasobodde okusisinkana oluvannyuma." }, { "english": "There are a lot of cars coming inside the country", "luganda": "Waliwo emmotoka nnyingi eziyingira mu ggwanga" }, { "english": "We shall handle this situation and the number of health workers shall increase", "luganda": "Embeera tujja kugikwasaganya era n'omuwendo gw'abajjanjabi gujja kweyongerako" }, { "english": "Let us hope they agreed on priorities", "luganda": "Ka tusuubire nti bakkiriziganya ku byetaagisa." }, { "english": "What did they talk about?", "luganda": "Baayogedde ku ki?" }, { "english": "Uganda is working on a countrywide railway line to connect markets", "luganda": "Uganda eri mu kaweefube w'okuzimba oluguudo lw'eggaali y'omukka mu ggwanga okusobola okugatta obutale." }, { "english": "They give us the market despite the transport problems", "luganda": "Batuwa akatale ng'oggyeko bizibu mu byentambula." }, { "english": "They provide us with timber", "luganda": "Batuwa embaawo." }, { "english": "There are movements of people in and out of the neighbouring country.", "luganda": "Waliwo okutambula kw'abantu abayingira n'okufuluma eggwanga erituliraanye." }, { "english": "Uganda will construct a railway line towards the Tanzanian border and Kenya respectively", "luganda": "Uganda ejja kuzimba oluguudo lw'eggaali y'omukka olugenda ku nsalo za Tanzania ne Kenya" }, { "english": "People are now able to use various means of transport.", "luganda": "Abantu kati basobola okweyambisa entambula ez'enjawulo." }, { "english": "Sacrificing ourselves will not be necessary we need better solutions.", "luganda": "Okwesaddaaka tekijja kwetaagisa twetaaga eky'okukola ekisingako." }, { "english": "We will stop after we have reached the final destination.", "luganda": "Tujja kuyimirira oluvannyuma nga tutuuse we tulaga." }, { "english": "The ministry will provide us with the means of transport.", "luganda": "Minisitule ejja kutuwa entambula." }, { "english": "Diabetes is a dangerous disease with no cure.", "luganda": "Obulwadde bwa sukaali bwa bulabe ate tebulina ddagala libuwonya." }, { "english": "They amended the constitution amidst controversial times.", "luganda": "Baakyusa ssemateeka mu kaseera akazibu." }, { "english": "He will park the car in a secure place.", "luganda": "Ajja kusimba emmotoka mu kifo ekirungi." }, { "english": "Hotels and lodges are facing a difficult time during the pandemic.", "luganda": "Zi wooteeri ne zi loogi bisanze akaseera akazibu mu bulwadde bunansi." }, { "english": "I need to get a driving permit this year.", "luganda": "Neetaaga okufuna ppamiti y'okuvuga omwaka guno." }, { "english": "How often do you go to church?", "luganda": "Ogenda ddi mu kkanisa?" }, { "english": "Prayer transforms people's way of life.", "luganda": "Essaala ekyusa embeera z'abantu." }, { "english": "All believers ought to be generous.", "luganda": "Abakkiriza bonna balina okuba bagabi." }, { "english": "To fight the coronavirus you need to feed well and also pray to Jesus Christ.", "luganda": "Okulwanyisa akawuka ka kolona weetaaga okulya obulungi era n'okusaba Yesu Kristo" }, { "english": "I declare a wonderful and prosperous today.", "luganda": "Nangirira olunaku olw'essanyu era olw'emikisa leero." }, { "english": "Lord I thank you for yesterday and I declare a new blessed day.", "luganda": "Mukama nkwebaza olw'olunaku lw'eggulo era nangirira olunaku olw'emikisa olugya." }, { "english": "You need a blessing from God.", "luganda": "Weetaaga omukisa okuva eri Katonda." }, { "english": "We need prayers in our daily lives.", "luganda": "Twetaaga essaala mu bulamu bwaffe obwa bulijjo." }, { "english": "Being faithful and trustworthy are should be every Christian core values.", "luganda": "Okubeera omukkiriza era omwesigwa ze zirina okuba empagi enkulu eza buli Mukrisitaayo." }, { "english": "Teargas and live bullets were used at demonstrators.", "luganda": "Omukka ogubalagala n'amasasi aga ddala byakozeseddwa ku beekalakaasi." }, { "english": "Tanks and heavy artilleries are used in the demonstrations.", "luganda": "Tanka ne byokulwanyisa eby'amaanyi bikozesebwa mu kwekalakaasa." }, { "english": "Killing others is very intolerable.", "luganda": "Okutta abalala tekikkirizibwa n'akatono." }, { "english": "Threats are rampant among people in the community.", "luganda": "Okutiisibwatiisibwa kweyongedde mu bantu mu kitundu." }, { "english": "Attempted murder is also considered a criminal case.", "luganda": "Okugezaako okutta nagwo gutwalibwa okuba omusango gw'obumenyi bw'amateeka" }, { "english": "Police should manage increasing gun cases.", "luganda": "Poliisi erina okukola ku misango gy'emmundu egyeyongera." }, { "english": "Theft is a great threat to the community.", "luganda": "Obubbi bwa ntiisa nnyo eri abantu." }, { "english": "Of late many people die of gun shootings.", "luganda": "Emabegako abantu bangi bafudde nga bakubibwa amasasi" }, { "english": "A man was shot three times in the stomach while on his way to work.", "luganda": "Omusajja yakubibwa amasasi emirundi esatu mu lubuto bwe yali agenda ku mulimu." }, { "english": "The president does not like the police to use guns in public.", "luganda": "Pulezidenti tayagala poliisi ekozese mmundu mu lujjudde." }, { "english": "Police have been heavily deployed to prevent riots and strikes from people.", "luganda": "Poliisi eyiiriddwa mu bungi okusobola okwewala obwegugungo n'okwekalakaasa mu bantu." }, { "english": "Police should learn from these party primaries.", "luganda": "Poliisi erina okuyigira ku kamyufu k'ebibiina." }, { "english": "Uganda police will do reshuffles any time this year.", "luganda": "Poliisi ya Uganda ejja kukola enkyukakyuka obudde bwonna mu mwaka guno." }, { "english": "The gun which the robbers used was stolen from the prison warden.", "luganda": "Emmundu ababbi gye baakozesa yabibbwa ku mukuumi w'ekkomera." }, { "english": "Security operatives were arrested yesterday for killing a civilian.", "luganda": "Ab'ebyokwerinda baakwatiddwa eggulo olw'okutta omutuuze." }, { "english": "Police have delayed releasing a report from investigations on the recent murder cases.", "luganda": "Poliisi eruddewo okufulumya alipoota eva mu kunoonyereza ku misango gy'obutemu egibaddewo gye buvuddeko." }, { "english": "How many motorcycles will be distributed?", "luganda": "Ppikipiki mmeka ezinaagabibwa?" }, { "english": "It is not good to eat a lot of beef.", "luganda": "Si kirungi okulya ennyo ennyama ya nte." }, { "english": "What are the challenges that hinder good hygiene?", "luganda": "Kusoomozebwa ki okulemesa obuyonjo?" }, { "english": "How do you overcome poor hygiene?", "luganda": "Ovvuunuka otya obujama?" }, { "english": "Some business owners try to dodge paying taxes.", "luganda": "Bannanyini bizinensi abamu bagezaako okwebalama okusasula emisolo." }, { "english": "Good leadership impacts people's lives.", "luganda": "Obukulembeze obulungi bukyusa obulamu bw'abantu." }, { "english": "Why is good hygiene important?", "luganda": "Lwaki buyonjo bwa mugaso?" }, { "english": "What diseases are caused by eating overstayed meat?", "luganda": "Ndwadde ki ezireetebwa okulya ennyama eruddewo?" }, { "english": "The prices of beef are high because of the Christmas season.", "luganda": "Ebbeeyi y'ennyama eri waggulu olwa sizoni ya Ssekukkulu." }, { "english": "Why are there few meat sellers in this town?", "luganda": "Lwaki abatunzi b'ennyama mu kibuga kino batono nnyo?" }, { "english": "People now prefer buying meat from the city abattoir to community butcheries.", "luganda": "Abantu kati baagala okugula ennyama mu lufula okusinga ku zi bbukya z'oku byalo." }, { "english": "There is a need to regulate the prices in the market.", "luganda": "Waliwo obwetaavu bw'okukendeeza ebbeeyi y'ebintu mu katale." }, { "english": "The city abattoir will be opened tomorrow.", "luganda": "Lufula y'omu kibuga ejja kuggulwawo enkya." }, { "english": "All women will be given cows as a way to boost family income.", "luganda": "Abakyala bonna bajja kuweebwa ente ng'engeri y'okutumbula ebyenfuna by'omu maka." }, { "english": "Butchers are advised to sell fresh meat to customers.", "luganda": "Bbukya ziweebwa amagezi okutunda ennyama ennamu eri abaguzi baazo." }, { "english": "Most butchers have their own customers to whom they sell their meat.", "luganda": "Bbukya ezisinga zirina abaguzi baazo be ziguza ennyama yaazo." }, { "english": "Who are the responsible citizens?", "luganda": "Abatuuze ab'obuvunaanyizibwa be b'ani?" }, { "english": "How do I maintain good health?", "luganda": "Nsobola kukuuma ntya obulamu obulungi?" }, { "english": "Pregnant mothers should be handled with care.", "luganda": "Abakyala b'embuto balina okukwatibwa n'obwegendereza." }, { "english": "Babies bring honour to the family.", "luganda": "Abaana baleeta ekitiibwa mu maka." }, { "english": "It was a painful moment when I was giving birth.", "luganda": "Kaali kaseera ka bulimi bwe nali nzaala." }, { "english": "Where can I get immunised from yellow fever?", "luganda": "Wa gye nsobola okwegemeseza omusujja gw'enkaka?" }, { "english": "How can I get my medical records from the hospital?", "luganda": "Nsobola ntya okufuna ebikwata ku bulamu bwange okuva mu ddwaliro?" }, { "english": "Is it normal for feet to swell during pregnancy?", "luganda": "Kya bulijjo ebigere okuzimba ng'oli lubuto?" }, { "english": "Breastfeeding is good for both the baby and its mother.", "luganda": "Okuyonsa kulungi eri omwana ne maama we." }, { "english": "Why is the dropout rate so high?", "luganda": "Lwaki okuwanduka mu ssomero kungi ennaku zino?" }, { "english": "There is another training today for those that missed out.", "luganda": "Waliwo okutendekebwa okulala leero okw'abo abaasubwa." }, { "english": "There is a low women representation in parliament.", "luganda": "Okukiikirirwa kw'abakyala mu paalamenti kutono." }, { "english": "How does domestic violence affect a woman?", "luganda": "Obutabanguko mu maka bukosa butya omukyala?" }, { "english": "What challenges are faced by women today?", "luganda": "Kusoomozebwa ki abakyala kwe basanga ennaku zino?" }, { "english": "It is unfortunate that even today women are being oppressed.", "luganda": "Kya nnaku nti ne leero abakyala bakyatulugunyizibwa." }, { "english": "A girl child is as important as a boy child.", "luganda": "Omwana omuwala wa mugaso ng'omwana omulenzi." }, { "english": "Most cultural practices tend to demote women's rights.", "luganda": "Ebikolwa byobuwangwa ebimu bitera okulinnyirira eddembe ly'abakyala." }, { "english": "Men in the villages oppress their wives.", "luganda": "Abaami mu byalo batulugunya bakyala baabwe." }, { "english": "Why are women empowerment programs so important?", "luganda": "Lwaki pulogulaamu z'okutumbula abakyala za mugaso?" }, { "english": "Private schools are performing better than government schools.", "luganda": "Amasomero g'obwannannyini gakola bulungi okusinga aga gavumenti." }, { "english": "We need women to take up leadership positions.", "luganda": "Twetaaga abakyala okutwala ebifo by'obukulembeze." }, { "english": "Many participants attended that concert.", "luganda": "Abeetabi bangi abajja mu kivvulu ekyo." }, { "english": "Men should be involved in the fight for women's right?", "luganda": "Abaami balina okwenyigira mu kulwanirira eddembe ly'abakyala." }, { "english": "Do you have a business name?", "luganda": "Olina erinnya lya business?" }, { "english": "Those policies are aimed at protecting local businesses.", "luganda": "Amateeka ago galuubirira okukuuma bizinensi za kuno." }, { "english": "That policy is intended to eliminate competition.", "luganda": "Etteeka eryo ligendererwamu okumalawo okuvuganya." }, { "english": "We need to have clear policies for our business.", "luganda": "Twetaaga okuba n'amateeka amalambulukufu agafuga bizinensi yaffe." }, { "english": "Landlords should make tenants sign an agreement.", "luganda": "Bannanyini mayumba balina okukozesa abapangisa endagaano." }, { "english": "We need to help coffee farmers in finding the right market.", "luganda": "Twetaaga okuyambako abalimi b'emmwanyi okufuna akatale akatuufu." }, { "english": "Are there any health risks involved in tobacco growing>", "luganda": "Waliwo obuzibu bwonna ku bulamu obuli mu kulima taaba?" }, { "english": "Which business are you operating?", "luganda": "Okola bizinensi ki?" }, { "english": "Which businesses should we look at as good examples in Uganda?", "luganda": "Bizinensi ki mu Uganda ze tuyinza okutwala ng'ebyokulabirako ebirungi?" }, { "english": "What kind of businesses operate in that community?", "luganda": "Bizinensi kika ki ezikolebwa mu kitundu ekyo?" }, { "english": "Have you submitted your assignment?", "luganda": "Owaddeyo omulimu gwo?" }, { "english": "Some Ugandans do business in South Sudan.", "luganda": "Bannayuganda abamu bakolera bizinensi mu South Sudan." }, { "english": "Those solar panels are big.", "luganda": "Embaati ezo ezikwata amasannyalaze g'enjuba nnene." }, { "english": "What are some of the challenges that hospitals face?", "luganda": "Kusoomozebwa ki amalwaliro kwe gasanga?" }, { "english": "The received donations will help address the problems we face.", "luganda": "Obuyambi obwafunibwa bujja kutuyamba okukola ku bizibu bye tusanga." }, { "english": "Power outage affects our business.", "luganda": "Ebbula ly'amasannyalaze likosa bizinensi zaffe." }, { "english": "Our health services are the best in the region.", "luganda": "Obujjanjabi bwaffe bwe businga obulungi mu kitundu kyonna." }, { "english": "These solar panels can light up the entire hospital.", "luganda": "Embaati z'amasannyalaze g'enjuba zino zisobola okwakisa eddwaliro lyonna." }, { "english": "Women give birth in the maternity ward.", "luganda": "Abakyala bazaalira mu kasenge omuzaalirwa." }, { "english": "Certificates were given out on the handover ceremony.", "luganda": "Satifikeeti zaagabibwa ku lunaku lw'okukyusa obukulembeze." }, { "english": "Solar power is a prefered alternative.", "luganda": "Amasannyalaze g'enjuba gaakubiri mu byettanirwa." }, { "english": "What should I do when there is a power outage?", "luganda": "Ki kye nnina okukola singa wabaawo ebbula ly'amasannyalaze?" }, { "english": "Solar power provides all the necessary power needs.", "luganda": "Amasannyalaze g'enjuba gakola byonna ebyetaago by'amasannyalaze." }, { "english": "Who are the victims of rape?", "luganda": "B'ani abaatuusibwako obuliisamaanyi?" }, { "english": "Men who marry underaged girls should be sent to prison.", "luganda": "Abasajja abawasa abawala abatanneetuuka balina kusindikibwa mu kkomera." }, { "english": "How long do rape case court hearings take?", "luganda": "Okuwulira emisango gy'obuliisamaanyi mu kkooti kutwala bbanga ki?" }, { "english": "What are some of the causes of school dropouts?", "luganda": "Bintu ki ebimu ebiviirako abaana okuwanduka mu ssomero?" }, { "english": "Some men do rape their wives.", "luganda": "Abaami abamu basobya ku bakyala baabwe." }, { "english": "We need to stop the habit of pushing young girls into marriage.", "luganda": "Twetaaga okukomya omuze gw'okusindiikiriza abawala abato mu bufumbo." }, { "english": "What are the effects of early marriages?", "luganda": "Biki ebiva mu kufumbirwa amangu?" }, { "english": "Why are there increasing rape cases?", "luganda": "Lwaki emisango gy'obuliisamaanyi gyeyongera?" }, { "english": "Why is it important to have a sustainable income?", "luganda": "Lwaki kya mugaso okubeera n'ebyenfuna ebitebenkedde?" }, { "english": "What are problems associated with rape?", "luganda": "Bizibu ki ebyekuusa ku buliisamaanyi?" }, { "english": "Why do we celebrate women's day?", "luganda": "Lwaki tujaguza olunaku lw'abakyala?" }, { "english": "Men should learn to work together with their wives.", "luganda": "Abaami balina okuyiga okukolera awamu ne bakyala baabwe." }, { "english": "What is the purpose of this investigation?", "luganda": "Okunoonyereza kuno kwa mugaso ki?" }, { "english": "Some of the refugees are good people.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu abamu bantu balungi." }, { "english": "Civilians are being recruited into the army.", "luganda": "Abantu ba bulijjo bayingizibwa mu magye." }, { "english": "Those security officials don't know the law.", "luganda": "Abakuumaddembe abo tebamanyi tteeka." }, { "english": "What has the government done on the issue of fake doctors?", "luganda": "Gavumenti ekozeewo ki ku nsonga y'abasawo abafere?" }, { "english": "What can you say about illegal businesses?", "luganda": "Kiki ky'oyinza okwogera ku bizinensi ezitali mu mateeka?" }, { "english": "Security guidelines are put in place to protect the citizens.", "luganda": "Amateeka g'ebyokwerinda gaateekebwawo okukuuma abatuuze." }, { "english": "Rebels have kidnapped the girls.", "luganda": "Abayeekera bawambye abawala." }, { "english": "We were captured by rebels.", "luganda": "Twakwatibwa abayeekera." }, { "english": "How long do refugees stay in the refugee camps?", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu bamala bbanga ki mu nkambi ?" }, { "english": "Ensuring security in the village is important.", "luganda": "Okunyweza ebyokwerinda mu kyalo kya mugaso nnyo." }, { "english": "Uganda has the biggest refugee group in the region.", "luganda": "Uganda erina ekibinja ky'abanoonyiboobubudamu ekisinga obunene mu kitundu." }, { "english": "How many cows are they giving out?", "luganda": "Nte mmeka ze bagaba?" }, { "english": "What is the difference between the two candidates?", "luganda": "Njawulo ki eriwo wakati w'abeesimbyewo ababiri?" }, { "english": "Who are the vulnerable people in the community?", "luganda": "Mu kitundu kyammwe b'ani abeetaaga obuyambi?" }, { "english": "Why should you speak on that matter?", "luganda": "Lwaki olina okwogera ku nsonga eyo?" }, { "english": "Why should you comment on that?", "luganda": "Lwaki olina okwogera ku ekyo?" }, { "english": "You must be a hard working person.", "luganda": "Olina okubeera omuntuo mukozi nnyo." }, { "english": "We are issuing out fertilizers to the most active farmers.", "luganda": "Tugabira abalimi abasinga okufaayo ebigimusa." }, { "english": "We need exemplary leaders.", "luganda": "Twetaaga abakulembeze abalabirwako." }, { "english": "The opposition leader was against that bill.", "luganda": "Omukulembeze w'oludda oluvuganya yali tawagira tteeka eryo." }, { "english": "This election is going to be very interesting.", "luganda": "Okulonda kuno kugenda kunyuma nnyo." }, { "english": "How can the government increase the cattle population?", "luganda": "Gavumenti eyinza etya okwongera ku bungi bw'ente?" }, { "english": "Bad politicians always engage in illegal activities.", "luganda": "Bannabyabufuzi ababi bulijjo beenyigira mu mirimu egimenya amateeka." }, { "english": "These leaders are selfish.", "luganda": "Abakulembeze bano beeyagaliza bokka." }, { "english": "Every woman should find some non government organisation to work with.", "luganda": "Buli mukazi alina okunoonya ekitongole ky'obwannayewa okukola nakyo." }, { "english": "Banana wastes are being used in the production of biogas.", "luganda": "Ebikuta by'amatooke bikozesebwa okukola amasannyalaze ga nnakavundira." }, { "english": "There is an increase in the growing of bananas in western Uganda.", "luganda": "Okulima amatooke kweyongedde mu bugwanjuba bwa Uganda." }, { "english": "Vanilla is in high demand.", "luganda": "Vvanira ali nnyo ku katale." }, { "english": "New species of bananas have been introduced to ensure continuous productivity.", "luganda": "Ebika by'amatooke ebipya bireeteddwa okusobola okukakasa nti okulima amatooke kusigala kugenda mu maaso." }, { "english": "Very few people have joined cotton farming.", "luganda": "Abantu batono nnyo abeenyigidde mu kulima ppamba." }, { "english": "People in urban areas can use small spaces for poultry farming.", "luganda": "Abantu abali mu bibuga basobola okulundira enkoko awafunda." }, { "english": "The project will support banana growers to continue with banana production.", "luganda": "Pulojekiti ejja kuyamba abalimi b'amatooke okugenda mu maaso n'okulima amatooke." }, { "english": "Farmers have improved on the quality of banana products on the market.", "luganda": "Abalimi bongedde ku mutindo gw'ebintu ebiva mu matooke ebiri ku katale." }, { "english": "Commercial agriculture will increase Uganda's exports.", "luganda": "Obulimi bw'ebirime ebitundibwa bujja kwongera ku muwendo gw'ebintu ebitundibwa ebweru w'eggwanga." }, { "english": "Every village should have a tractor that can be used by farmers.", "luganda": "Buli kyalo kirina okubeera ne ttulakita abalimi gye basobola okukozesa." }, { "english": "Farmers have to be supported to address existing challenges.", "luganda": "Abalimi balina okuyambibwa okusobola okuvvuunuka okusoomoozebwa okuliwo." }, { "english": "Youth and women have generated income from banana growing.", "luganda": "Abavubuka n'abakyala bafunye ensimbi mu kulima amatooke." }, { "english": "There is increased demand for local products on the international market.", "luganda": "Ebyamaguzi ebikolebwa kuno byeyongedde okwettanirwa ku katale k'ensi yonna." }, { "english": "It involves analysing cash inflow and outflow.", "luganda": "Kizingiramu okwekenneenya ennyingiza ya ssente n'enfulumya yaazo." }, { "english": "The number of palm oil growers is increasing in the country.", "luganda": "Enamba y'abalimu b'ebinazi yeeyongera mu ggwanga." }, { "english": "The challenges faced by oil palm growers will be addressed.", "luganda": "Okusoomoozebwa abalimi b'ebinazi kwe basanga kujja kugonjoolwa." }, { "english": "People have to engage in economic activities to acquire income.", "luganda": "Abantu beenyigidde mu mirimu egivaamu ssente okusobola okufuna ssente." }, { "english": "People will be given land and seeds to increase palm oil growing.", "luganda": "Abantu bajja kuweebwa ettaka n'ensigo okusobola okwongera ku bulimi bw'ebinazi." }, { "english": "The local processors will provide a market for the palm oil farmers.", "luganda": "Amakolero ga wano gajja kuwa abalimi b'ebinazi akatale." }, { "english": "People got an income-generating opportunity which has improved their social life.", "luganda": "Abantu baaafuna ebintu bye baggyamu ensimbi ekibaganyulidde awamu." }, { "english": "Improvement of people's lives should be a priority for this new program.", "luganda": "Okutumbula embeera y'obulamu bw'abantu kirina okubeera ku mwanjo mu nteekateeka eno empya." }, { "english": "What is happening in Uganda?", "luganda": "Ki ekigenda mu maaso mu Uganda?" }, { "english": "The ministry will distribute palm oil seeds to the farmers.", "luganda": "Minisitule ejja kugabira abalimi ensigo z'ebinazi." }, { "english": "The government will increase funds for palm oil production.", "luganda": "Gavumenti ejja kwongera ku nsimbi z'essa mu kulima ebinazi." }, { "english": "Palm oil growing has been encouraged locally.", "luganda": "Okulima ebinazi kubadde kukubirizibwa wano." }, { "english": "The minister showed the president the progress in the Agricultural sector.", "luganda": "Minisita yalaze pulezidenti ebituukiddwako mu byobulimi." }, { "english": "Every farmer should rear animals in addition to growing crops.", "luganda": "Buli mulimi alina okulunda ebisolo okwongereza ku kulima ebirime." }, { "english": "All local council chairpersons need to at least have a bicycle.", "luganda": "Bassentebe b'ebyalo bonna beetaaga waakiri okubeera n'obugaali." }, { "english": "Extension workers need new vehicles and motorcycles.", "luganda": "Abakozi abatambuza ebintu beetaaga emmotoka ne ppikipiki empya" }, { "english": "Farmers need help to reach certain markets.", "luganda": "Abalimi beetaaga obuyambi okutuuka ku butale obumu" }, { "english": "It can preserve the milk for a long time.", "luganda": "Kisobola okukuuma amata okumala ebbanga eggwanvu." }, { "english": "It is reliable and can assess the quality of all milk products.", "luganda": "Kyesigamibwako era kisobola okwekenneenya omutindo gw'ebintu byonna ebikolebwa mu mata." }, { "english": "It is efficient and gives instant feedback.", "luganda": "Kakola bulungi era kazza mangu obubaka." }, { "english": "What nutrients are found in the milk?", "luganda": "Biriisa ki ebisangibwa mu mata?" }, { "english": "There is a device which analyzes the quality level of milk.", "luganda": "Waliwo akuuma ekyekenneenya omutindo gw'amata." }, { "english": "Every government school should have a laboratory.", "luganda": "Buli ssomero lya bonnabasome lirina okuba n'ekkeberero." }, { "english": "Every farmer can be able to test their own milk for marketing purposes.", "luganda": "Buli mulimu asobola okwekeberera amata ge nga tannagatunda." }, { "english": "Farmers will be able to preserve milk and prevent contamination.", "luganda": "Abalimi bajja kusobola okutereka obulungi amata n'okugakuuma obutayonooneka." }, { "english": "Farmers were able to learn how to produce quality milk and how to preserve it.", "luganda": "Abalimi baasobola okuyiga engeri y'okufulumyamu amata agali ku mutindo n'engeri y'okugakuumamu." }, { "english": "It will help farmers with milk products to access the international market.", "luganda": "Kijja kuyamba abalimi abalina ebintu ebikolebwa mu mata okufuna akatale k'ensi yonna." }, { "english": "The dairy farmers will now have access to mobile laboratories.", "luganda": "Abalunzi b'ente kati bajja kusobola okufuna amakeberero agatambuzibwa." }, { "english": "The laboratory will test the quality levels of milk.", "luganda": "Ekkeberero lijja kukebera omutindo gw'amata." }, { "english": "Agriculture has developed with the introduction of new equipment and dairy processors.", "luganda": "Ebyobulimi n'obulunzi bikulaakulanye nnyo olw'okujja kw'ebikozesebwa ebipya n'ebikozesebwa mu kulongoosa amata." }, { "english": "The Dairy development authority has spearheaded milk production processing and supply.", "luganda": "Ekitingole kya Dairy Development Authority kiwomye omutwe mu kufulumya amata okugalongoosa n'okugasaasaanya." }, { "english": "One of the government's priority is to provide agricultural equipment to the farmers.", "luganda": "Ekimu ku gavumenti by'ekulembezza kwe kuwa abalimi ebyeyambisibwa mu kulima." }, { "english": "More and more farmers will acquire better and improved services throughout the country.", "luganda": "Abalimi bangi nnyo okwetooloola eggwanga bajja kweyongera okufuna empeereza ennungi." }, { "english": "Farmers were equipped with relevant knowledge to conduct activities in a profitable manner.", "luganda": "Abalimi baaweereddwa amagezi ku nzirukanya y'emirimu mu ngeri ewa amagoba." }, { "english": "Farmers in Lira were trained to manage and control crop pests and diseases.", "luganda": "Abalimi mu Lira baatendekebwa ku kuziyiza n'okutangira ebiwuka ebyonoona ebimera n'endwadde." }, { "english": "Farmers need better roads to transport their goods to the markets.", "luganda": "Abalimi beetaaga enguudo ennungi okutambuza ebyamaguzi byabwe okubitwala mu butale." }, { "english": "Farmers need to target both local and international markets.", "luganda": "Abalimi beetaaga okuluubirira abutale obw'awaka n'obwensi yonna." }, { "english": "Farmers acquired knowledge about good and bad soils.", "luganda": "Abalimi baafuna amagezi ku ttaka eddungi n'ebbi." }, { "english": "The people of Northern Uganda have increased their participation in Agriculture.", "luganda": "Abantu b'omu bukiikakkono bwa Uganda beeyongedde okwenyigira mu bulimi n'obulunzi.." }, { "english": "The factory has enhanced agricultural productivity by providing farmers with fertilisers.", "luganda": "Ekkolero lyongedde ku byobulimi nga liwa abalimi ebigimusa." }, { "english": "Natural fertilizers are better than artificial fertilizers.", "luganda": "Ebigimusa by'obutonde bisinga ebikolerere." }, { "english": "Farmers have to improve soil fertility in order to have a better harvest.", "luganda": "Abalimi balina okwongera ku bugimu bw'ettaka okusobola okufuna amakungula amalungi." }, { "english": "Improved seed varieties increase good quality output and guarantee better agricultural exports.", "luganda": "Ensigo ennongooseemu z'ongera ku mutindo gw'ebirime ebikungulwa wamu n'ebirime ebitundibwa ebweru w'eggwanga." }, { "english": "It's important for every farmer to understand market prices.", "luganda": "Kya mugaso buli mulimi okutegeera emiwendo gy'ebintu mu katale." }, { "english": "Uganda's weather is very good for agriculture.", "luganda": "Embeera y'obudde ya Uganda nnungi nnyo ku byobulimi." }, { "english": "Ugandans need improved seed varieties for better output.", "luganda": "Bannayuganda beetaaga ebika by'ensigo ebirongooseemu okusobola okufuna amakungula amalungi." }, { "english": "There is a meeting between sub-county extension workers and Village Health Teams.", "luganda": "Waliwo ensisinkano wakati w'abakozi b'e Ggombolola ne ttiimu z'ekyalo ez'ebyobulamu." }, { "english": "The project should benefit the people in the local community.", "luganda": "Pulojekiti erina okuganyula abantu mu byalo." }, { "english": "We need to assess every team member.", "luganda": "Twetaaga okutuuka ku buli mmemba wa ttiimu." }, { "english": "Isingiro District is improving its agricultural markets.", "luganda": "Disitulikiti y'e Isingiro eyongera ku butale bwayo obw'ebyobulimi." }, { "english": "Farmer groups should be introduced in every district.", "luganda": "Ebibiina by'abalimi birina okutandikibwawo mu buli disitulikiti." }, { "english": "Some things can never be taught at school.", "luganda": "Ebintu ebimu tebisobola kusomesebwa mu ssomero." }, { "english": "All pupils should do an oral and written exam.", "luganda": "Abayizi bonna balina okukola ekigezo ekyogere n'ekiwandiike." }, { "english": "They should be organised into groups.", "luganda": "Balina okutegekebwa mu bibinja." }, { "english": "We need organizations that want to help Ugandans without torturing them.", "luganda": "Twetaaga ebitongole ebyagala okuyamba bannayuganda nga tebibatulugunya." }, { "english": "Women and men should be educated on how to resolve family conflict.", "luganda": "Abakyala n'abaami balina okusomesebwa ku ngeri z'okugonjoolamu obukuubagano mu maka." }, { "english": "The government of Uganda is working on a new education policy.", "luganda": "Gavumenti ya Uganda eri mu kukola ku tteeka eppya mu bisomesebwa." }, { "english": "There is a lot of poverty in rural areas", "luganda": "Obavu bungi nnyo mu byalo" }, { "english": "Communication skills should be part of the education curriculum.", "luganda": "Obukodyo bw'okuwuliziganya bulina okubeera ekitundu ku bisomebwa." }, { "english": "Many Ugandans know how to speak English.", "luganda": "Bannayuganda bangi bamanyi okwongera Olungereza." }, { "english": "We need to work on deadlines.", "luganda": "Tulina okukolera mu budde." }, { "english": "Ugandans should gain computer knowledge.", "luganda": "Bannayuganda balina okuyiga okukozesa kompyuta." }, { "english": "You need to have a clear goal before you set up a project.", "luganda": "Olina okuba n'ekiruubirirwa ekiteeketeeke obulungi nga tonnatandikawo pulojekiti." }, { "english": "Most hotels in Uganda have good managers.", "luganda": "Wooteeri ezisinga mu Uganda zirina bamaneja abalungi" }, { "english": "There will be the supervision of the project activities.", "luganda": "Wajja kubaawo okulondoola emirimu gya pulojekiti" }, { "english": "We need to identify the key stakeholders.", "luganda": "Tulina okuzuula be kikwatako abakulu." }, { "english": "The project will follow specific government procedures in its establishment.", "luganda": "Pulojekiti ejja kugoberera enkola za gavumenti ng'etandikiddwawo." }, { "english": "The role of the specialist will be to draft the technical guidelines.", "luganda": "Omulimu gw'omukugu kujja kuba kubaga ebigobererwa eby'ekikugu." }, { "english": "We need to recruit experts to coordinate the project activities", "luganda": "Twetaaga okuleeta abakugu okukwasaganya emirimu gya pulojekiti." }, { "english": "We need better ways to transport our goods to the market.", "luganda": "Twetaaga engeri ennungi z'okutambuzaamu ebyamaguzi byaffe okubituusa mu katale." }, { "english": "The project emphasizes the quality of agricultural output and the need to address challenges.", "luganda": "Pulojekiti essira eriteeka ku mutindo gw'ebikungulwa n'obwetaavu bw'okumalawo ebisoomoozo." }, { "english": "People will acquire income by engaging in agribusiness and management.", "luganda": "Abantu bajja kufuna ssente nga beenyigira mu bulimu." }, { "english": "The project aims at improving the income levels of people through improving agricultural production.", "luganda": "Puloojekiti eruubirira kutumbula nnyingiza z'abantu ng'eyita mu kwongera ku makungula." }, { "english": "The project will bring partners on board to discuss value addition strategies.", "luganda": "Pulojekiti ejja kutuula ne bannamikago okukubaganya ebirowoozo ku ngeri z'okwongera ku mutindo." }, { "english": "The ministry will coordinate all activities in the project.", "luganda": "Minisitule ejja kukwasaganya emirimu gyonna mu pulojekiti." }, { "english": "We have received funds to support agriculture projects.", "luganda": "Tufunye ssente okuvujjirira pulojekiti z'obulimi." }, { "english": "The system was established by the ministry of health.", "luganda": "Enkola yateekebwawo minisitule y'ebyobulamu." }, { "english": "The system provides accurate information and insights into what might happen.", "luganda": "Enkola ewa amawulire amatuufu n'okuteebereza ku ki ekiyinza okuddirira." }, { "english": "The farmers' register helps chiefs to know which people engage in agriculture.", "luganda": "Olukalala okuwandiikibwa abalimi luyamba abakungu okumanya bantu ki abeenyigira mu bulimi." }, { "english": "The leaders were educated on how to use the new system.", "luganda": "Abakulembeze baasomeseddwa ku ngeri y'okukozesaamu enkola empya." }, { "english": "The Ministry involved stakeholders to discuss the way forward for agriculture.", "luganda": "Minisitule yeebuuzizza ku be kikwatako ku kutema empenda ku ky'okuzzaako mu bulimi." }, { "english": "Data collected looks at how farmers conduct activities.", "luganda": "Ebiwe ebikungaanyizibwa bitunuulira engeri abalimi gye bakolamu emirimu." }, { "english": "The system will help the planners to execute and supervise activities.", "luganda": "Enkola ejja kuyamba abateesiteesi okutuukiriza n'okulondoola emirimu." }, { "english": "Few districts will benefit at first then the project will go nationwide.", "luganda": "Disitulikiti ntono ezijja okusooka okuganyulwa n'oluvannyuma pulojekiti eryoke ebune eggwanga lyonna." }, { "english": "The system has helped to increase production in the industry.", "luganda": "Enkola eyambye okwongera ku bifulumizibwa mu kkolero." }, { "english": "Farmers are planting improved seed varieties.", "luganda": "Abalimi basiga ensigo ennongooseemu ez'enjawulo." }, { "english": "Farmers are producing quality grain output.", "luganda": "Abalimi bafulumya emmere y'empeke eri ku mutindo." }, { "english": "Boxing is now an internationally recognised sport.", "luganda": "Ebikonde kati muzannyo ogumanyiddwa mu nsi zonna." }, { "english": "Different people are into athletics these days.", "luganda": "Abantu ab'enjawulo beenyigidde mu misinde ennaku zino." }, { "english": "Uganda's athletics are winning a lot of medals.", "luganda": "Abaddusi ba Uganda bawangula emidaali mingi nnyo." }, { "english": "Uganda's athletics are performing well these days.", "luganda": "Abaddusi ba Uganda bakola bulungi ennaku zino." }, { "english": "Scoring more than a hundred goals for the national team is a great achievement.", "luganda": "Okuteebera ttiimu y'eggwanga ggoolo ezisukka mu kikumi buba buwanguzi bunene." }, { "english": "Uganda's sports sector is facing a lot of problems.", "luganda": "Ebyemizannyo mu Uganda bisanga ebizibu bingi." }, { "english": "He won his first gold medal during the athletic games.", "luganda": "Yawangula omudaali gwe ogwa zzaabu ogwasooka mu mpaka z'okudduka." }, { "english": "Express football club promises to perform well.", "luganda": "Ttiimu ya Express ewa essuubi okukola obulungi." }, { "english": "Namboole Stadium has a management team for sporting events.", "luganda": "Ekisaawe ky'e Namboole kirina akakiiko akafuzi akutegeka emizannyo." }, { "english": "He left his home village at a tender age to play football in the city.", "luganda": "Yava mu kyalo gy'azaalibwa nga muto n'agenda okuzannya omupiira mu kibuga." }, { "english": "An outfield player can make any number of mistakes in a game and get away with it.", "luganda": "Omuzannyi azannyira ku mabbali g'ekisaawe asobola okukola ensobi ez'enjawulo mu muzannyo n'atanenyezebwa." }, { "english": "He is the fastest runner in the whole country.", "luganda": "Ye muddusi asinga mu ggwanga lyonna." }, { "english": "This is necessary for a team to score a goal.", "luganda": "Kino kyetaagisa ttiimu okuteeba goal." }, { "english": "Express fans should think about respecting the club's players one of these days.", "luganda": "Abawagizi ba Express balina okulowooza ku kuwa abazannyi baabwe ekitiibwa mu lumu ku nnaku zino." }, { "english": "Manchester United fans in Uganda are hiding because they lost to Tottenham.", "luganda": "Abawagiza ba Manchester United mu Uganda beekweka kubanga Tottenham yabawangula." }, { "english": "Strikers are important in winning a football game.", "luganda": "Abateebi ba mugaso mu kuwangula omupiira." }, { "english": "A few of these sportsmen are able to display exceptional football skills", "luganda": "Ku bannabyamizannyo bano batono abasobola okwolesa obukodyo bw'omupiira obusukkulumu." }, { "english": "You are welcome to enrol at our university.", "luganda": "Oyanirizibwa okwewandiisa ku ssettendekero yaffe." }, { "english": "Court orders have effects on investors.", "luganda": "Ebiragiro bya kkooti birina kye bitegeeza eri bamusigansimbi." }, { "english": "He was asked many questions during cross-examination by the lawyers.", "luganda": "Yabuuzibwa ebibuuzo bingi mu kaseera k'okuwa bannamateeka obujulizi." }, { "english": "We have the liberty to worship God.", "luganda": "Tulina eddembe okusinza Katonda." }, { "english": "What you need to know when putting up the kitchen.", "luganda": "Bye weetaaga okumanya ng'ozimba effumbiro." }, { "english": "Everyone talks about sports.", "luganda": "Buli omu ayogera ku byemizannyo." }, { "english": "Those two buildings look alike.", "luganda": "Ebizimbe ebyo ebibiri bifaanagana." }, { "english": "Commonwealth conferences are to be held in Uganda.", "luganda": "Enkiiko z'amawanga agaali amatwale ga Bungereza zaakutuula mu Uganda" }, { "english": "How should we pray?", "luganda": "Tuyinza kusaba tutya?" }, { "english": "Why did the coach substitute that player?", "luganda": "Lwaki omutendesi yaggyamu omuzannyi oyo?" }, { "english": "The president appoints young leaders.", "luganda": "Pulezidenti alonda abakulembeze abato." }, { "english": "Politicians from the north have been more influential than ever.", "luganda": "Bannabyabufuzi okuva mu bukiikakkono babadde ba nkizo nnyo ekibadde tekibangawo." }, { "english": "Women empowerment programs are put in place", "luganda": "Pulogulaamu z'okusitula abakyala ziteekeddwawo." }, { "english": "Students danced and sang for our guests.", "luganda": "Abayizi baazina wamu n'okuyimbira abagenyi baffe." }, { "english": "To be a Christian leader you must study theology.", "luganda": "Okubeera omukulembeze w'abakrisitaayo olina okusoma ebyeddiini." }, { "english": "Parliament sits only two days in the week.", "luganda": "Paalamenti etuula ennaku bbiri zokka mu wiiki." }, { "english": "That style of dancing has become famous lately.", "luganda": "Omusono gw'amazina gwettaniddwa nnyo ebiseera bino." }, { "english": "The speaker has addressed all the delegates from other countries.", "luganda": "Omwogezi yayogeddeko eri abakungu bonna okuva mu nsi endala." }, { "english": "This disease has affected all the people in our community.", "luganda": "Ekirwadde kino kikosezza abantu bonna mu kitundu kyaffe." }, { "english": "Delegates from other countries are always welcome.", "luganda": "Abakungu okuva mu nsi endala lubeerera baanirizibwa." }, { "english": "Actors and artists are now pursuing politics.", "luganda": "Bannakatemba ne bannabitone kati bali mu byabufuzi." }, { "english": "There is a lot of traffic on the road.", "luganda": "Akalippagano kangi nnyo ku luguudo." }, { "english": "News updates are starting at any time.", "luganda": "Okumanyisibwa okupya kutandika budde bwonna." }, { "english": "Soldiers can also participate in sports.", "luganda": "Abasirikale nabo basobola okwetaaba mu byemizannyo." }, { "english": "I need to learn how to bake cakes and bread.", "luganda": "Neetaaga okuyiga bwe bafumba kkeeki n'omugaati." }, { "english": "To resolve this conflict both leaders have to meet.", "luganda": "Okumalawo akakuubagano kano abakulembeze bombi balina okusisinkana." }, { "english": "There is a lot of land grabbing in your area.", "luganda": "Ekibbattaka kingi mu kitundu kyammwe." }, { "english": "Have you watched that movie before?", "luganda": "Wali walabako ku firimu eyo?" }, { "english": "Smugglers always put their lives on the line.", "luganda": "Abakukusa ebyamaguzi batera okuteeka obulamu bwabwe mu katyabaga." }, { "english": "The wedding is live on television.", "luganda": "Embaga eragibwa butereevu ku terefayina." }, { "english": "Entebbe is the only international airport in Uganda.", "luganda": "Entebbe kye kisaawe ky'ennyonyi kyokka mu Uganda ekiri ku mutindo gw'ensi yonna." }, { "english": "Is that interview live?", "luganda": "Yintaviyu eyo ekolebwa kati?" }, { "english": "Leaders are responsible for maintaining peace in their communities.", "luganda": "Abakulembeze balina obuvunaanyizibwa okukuuma eddembe mu bitundu byabwe." }, { "english": "Ugandans like travelling a lot.", "luganda": "Bannayuganda baagala nnyo okutambula." }, { "english": "Has the game started?", "luganda": "Omuzannyo gutandise?" }, { "english": "Who was Uganda's first president?", "luganda": "Ani pulezidenti wa Uganda eyasooka?" }, { "english": "Very many television and radio stations have come up in Kampala", "luganda": "Ttivvi nnyingi ne laadiyo zitandikiddwawo mu Kampala." }, { "english": "Every year we participate in the marathon.", "luganda": "Buli mwaka twetaba mu misinde mubunabyalo." }, { "english": "Can you believe that elections are next month?", "luganda": "Osobola okukkiriza nti okulonda kwa mwezi gujja?" }, { "english": "Poor pay leads to crime.", "luganda": "Ensasula embi ereetera emisango." }, { "english": "We can fight against cancer by creating public awareness.", "luganda": "Tusobola okulwanyisa kkookolo nga tumanyisa abantu." }, { "english": "Accidents are common on that highway road.", "luganda": "Obubeje bungi ku luguudo mwasanjala olwo." }, { "english": "Physical activities are good for our health.", "luganda": "Dduyiro mulungi eri obulamu bwaffe." }, { "english": "The analysis shows that young leaders are most likely to win the elections.", "luganda": "Okwekenneenya kulaga nti abakulembeze abato bandiwangula okulonda." }, { "english": "A marathon is a long-distance race.", "luganda": "Mubunabyalo kwe kudduka emisinde emiwanvu." }, { "english": "How do you support women?", "luganda": "Owagira otya abakazi?" }, { "english": "Violence against humanity is bad", "luganda": "Okutyoboola kw'eddembe ly'obuntu kibi." }, { "english": "Fundraising is one way to get money.", "luganda": "Okusonda y'emu ku ngeri z'okufuna ssente." }, { "english": "The Internet is the source of knowledge lately.", "luganda": "Omutimbagano nsibuko ya kumanya." }, { "english": "Most taxi drivers are indisciplined.", "luganda": "Abavuzi ba ttakisi abasinga tebalina mpisa." }, { "english": "Product prices are always low on Black Friday.", "luganda": "Emiwendo gy'ebyamaguzi gitera kubeera wansi ku Black Friday." }, { "english": "People buy more on Black Friday.", "luganda": "Abantu bagula nnyo ku Black Friday." }, { "english": "Black Friday is normally in November.", "luganda": "Black Friday etera kubaawo mu Museenene." }, { "english": "Ugandans are great people.", "luganda": "Bannayuganda bantu ba nkizo." }, { "english": "Children are a blessing from God.", "luganda": "Abaana mukisa okuva eri Katonda." }, { "english": "Cancer of the cervix is a deadly disease.", "luganda": "Kkookolo w'omumwa gwa nnabaana bulwadde bwa bulabe nnyo." }, { "english": "We can enjoy and play the way we want.", "luganda": "Tusobola okunyumirwa n'okuzannya mu ngeri gye twagala." }, { "english": "Let us keep the togetherness at all costs.", "luganda": "Tukuume obumu mu ngeri yonna." }, { "english": "People are already excited about today.", "luganda": "Abantu basanyufu olwa leero." }, { "english": "This is real fun make sure you are part of it.", "luganda": "Guno omuzannyo gwa ddala fuba okulaba ng'oli ku kitundu ku gwo." }, { "english": "Let us go to a place where our children will be happy", "luganda": "Ka tugende mu kifo abaana baffe gye banaasanyukira" }, { "english": "The new developments are convenient and user friendly", "luganda": "Enkulaakulana empya eriwo nnungi era nnyangu ya kukozesa." }, { "english": "Ugandans appreciate the efficiency and developments taking place", "luganda": "Bannayuganda beebaza obwangu n'enkulaakulana eriwo." }, { "english": "The youth should be sensitized and educated about what is best for their lives", "luganda": "Abavubuka balina okumanyisibwa n'okusomesebwa ku biki ebirungi eri obulamu bwabwe." }, { "english": "Cryptocurrency has no rules governing it", "luganda": "Okuzaaza mu ssente tekulina mateeka gakufuga." }, { "english": "Ugandan airlines has been re-established", "luganda": "Entambula y'ennyonyi mu ggwanga ezziddwawo." }, { "english": "The lawbreakers have been taken to the courts of law", "luganda": "Abamenyi b'amateeka batwaliddwa mu mbuga z'amateeka" }, { "english": "The challenges faced by people need immediate solutions.", "luganda": "Okusoomoozebwa abantu kwe bayitamu kwetaaga kukolwako mangu." }, { "english": "Some rich men act arrogantly.", "luganda": "Abasajja abagagga abamu beemanyi." }, { "english": "My wife needs to work hard and establish other sources of income", "luganda": "Mukyala wange yeetaaga okukola ennyo okusobola okufuna amakubo amalala ag'okuggyamu ssente" }, { "english": "The historicals will be remembered for their contributions towards the country.", "luganda": "Bannabyafaayo bajja kujjukirwa olw'ebyo bye baakolera eggwanga." }, { "english": "Everything is now going to be fine", "luganda": "Buli kimu kati kigenda kuba bulungi" }, { "english": "People are on their way to celebrate and enjoy the festive season", "luganda": "Abantu bali mu lugendo okujaguza n'okunyumirwa ennaku enkulu." }, { "english": "People should resort to bodabodas as the alternative system of transport", "luganda": "Abantu balina okudda ku booda booda ng'engeri endala ey'entambula" }, { "english": "The Professor will execute his duties and responsibilities systematically", "luganda": "Pulofeesa ajja kutuukiriza emirimu gye n'obuvunaanyizibwa bwe mu mitendera." }, { "english": "We need to reach Masaka very fast", "luganda": "Twetaaga okutuuka e Masaka mu bwangu ddala" }, { "english": "All pensioners should be given their money without fail", "luganda": "Bonna abalina okufuna akasiimo balina okuweebwa ssente zaabwe awatali kulemererwa" }, { "english": "Some designers have created new stylish Muslim attires.", "luganda": "Abambazi abamu batonzeewo ebyambalo by'abasiraamu ebipya." }, { "english": "Mikel Arteta was recruited to win the football league.", "luganda": "Mikel Arteta yaleetebwa kuwangula liigi y'omupiira." }, { "english": "People should fulfil their family obligations.", "luganda": "Abantu balina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka." }, { "english": "People are going to the villages to spend the festive season", "luganda": "Abantu bagenda mu byalo okumalayo ennaku z'ebikujjuko." }, { "english": "Uganda is in the Sub Saharan part of Africa.", "luganda": "Uganda eri mu Subsaharan ya Africa." }, { "english": "Birds are enjoying themselves in the air", "luganda": "Ebinyonyi by'eyagalira mu bbanga" }, { "english": "We have to move cautiously until everything has settled.", "luganda": "Tulina okutambula n'obwegendereza okutuusa nga buli kintu kiwedde." }, { "english": "Peace and stability are important in every country.", "luganda": "Eddembe n'obutebenkevu bya mugaso mu buli ggwanga." }, { "english": "Politically inspired demonstrations are dangerous.", "luganda": "Obwegugungo obuvudde ku byobufuzi bwa bulabe." }, { "english": "We give the latest information about different activities.", "luganda": "Tuwa obubaka obuliko ku mirimu egy'enjawulo." }, { "english": "Efforts are taking place to combat the ebola virus outbreak", "luganda": "Amaanyi weegali okumalawo okubalukawo kw'akawuka ka ebola." }, { "english": "Sensitization programs for pregnant mothers should be revised.", "luganda": "Pulogulaamu z'okumanyisa bamaama abali embuto zirina okuddamu okutunulwamu." }, { "english": "We should ensure proper sanitation to avoid diseases.", "luganda": "Tulina okukuuma obuyonjo okwewala endwadde." }, { "english": "Cholera has broken out in Kampala because of poor hygiene.", "luganda": "Kkolera abaluseewo mu Kampala olw'obukyafu." }, { "english": "The ministry of health wants to improve the quality of oxygen in referral hospitals", "luganda": "Ekitongole ky'ebyobulamu kyagala kulongoosa mutindo gw'omukka oguyamba abalwadde okussa mu malwaliro awasindikibwa abalwadde" }, { "english": "Partnerships with other countries were established to increase health supplies", "luganda": "Emikago n'amawanga amalala gyateekebwawo okwongera ku kubunyisa ebyetaagisa mu byobulamu." }, { "english": "The efforts to eradicate malaria are underway headed by the Minister of Health", "luganda": "Kaweefube w'okumalawo omusujja gw'ensiri waali akulembeddwamu minisita w'ebyobulamu." }, { "english": "The need for better livelihood leads to the creation of better policies for homeless people.", "luganda": "Obwetaavu bw'okusitula omutindo gw'ebyobulamu guleetera okutondawo enkola ennungamu ez'abantu abatayina we babeera." }, { "english": "Children should be educated on how to avoid HIV and stay healthy.", "luganda": "Abaana balina okusomesebwa ku ngeri y'okwewalamu akawuka akaleeta siriimu basigale nga balamu." }, { "english": "People were educated and they understood the importance of screening and testing.", "luganda": "Abantu basomesebwa ne bategeera omugaso gw'okwekebeza." }, { "english": "Collective efforts are in place to defeat one of the most dangerous diseases.", "luganda": "Amaanyi aga wamu gateereddwawo okulwanyisa endwadde ezisingay obulabe." }, { "english": "Girls should be vaccinated for cervical cancer.", "luganda": "Abawala balina okugemebwa kkookolo w'omumwa gwa nnabaana." }, { "english": "We should spray all mosquito habitats near our homes.", "luganda": "Tulina okufuuyira ebifo ensiri we zibeera okulinaana amaka gaffe." }, { "english": "People should work together and combat diseases.", "luganda": "Abantu balina okukolera awamu okulwanyisa endwadde." }, { "english": "Our workers should go and enjoy themselves on this special day.", "luganda": "Abakozi baffe balina okugenda ne banyumirwamu ku lunaku luno olw'enjawulo." }, { "english": "Uganda will have access to better drugs in the future.", "luganda": "Uganda ejja kuba esobola okufuna eddagala eddungi mu biseera by'omu maaso." }, { "english": "We need to make sure there are no mosquito-infested areas near our homes.", "luganda": "Twetaaga okukakasa nti tewali bifo birimu nsiri byetoolodde maka gaffe." }, { "english": "Medical facilities are being improved to the standard.", "luganda": "Ebifo ebijjanjabirwamu biri mu kulongoosebwa okutuuka ku mutindo." }, { "english": "Leaders will be educated about several ways to combat different infections", "luganda": "Abakulembeze bajja kusomeebwa ku ngeri ez'enjawulo ez'okumalawo obulwadde obw'enjawulo." }, { "english": "The new medical facility has reached the final stages", "luganda": "Ekifo awajjanjabirwa ekipya kituuse ku mitendera egisembayo" }, { "english": "The different stakeholders met to discuss medical challenges in villages.", "luganda": "Abakwatibwako ensonga ab'enjawulo baasisinkanye okubaganya ebirowoozo ku kusomoozebwa kw'ekisawo mu byalo." }, { "english": "A personal assessment will be carried out for records and archives purposes.", "luganda": "Okwekebejja omuntu kujja kukolebwa okukuuma n'okutereka ebiwandiiko." }, { "english": "Malaria has become an extremely dangerous disease", "luganda": "Omusujja gw'ensiri gufuukidde ddala gwa bulabe" }, { "english": "How can we help people who have hearing problems?", "luganda": "Tuyinza kuyamba tutya abantu abalina obuzibu bw'okuwulira?" }, { "english": "Ugandans are still safe from the ebola virus outbreak", "luganda": "Bannayuganda bakyali bulungi ku kubalukawo kw'akawuka ka ebola." }, { "english": "We should embark on informing people and encouraging them to vaccinate", "luganda": "Tulina okwenyigira ku ky'okutegeeza abantu n'okubakubiriza okugema" }, { "english": "Let us go for check-ups", "luganda": "Ka tugende tukeberebwe" }, { "english": "Women will have access to free medical services which will improve their lives", "luganda": "Abakyala bajja kusobola okufuna obuweereza ku byobulamu ku bwereere ebinaalongoosa obulamu bwabwe." }, { "english": "The full dose for tuberculosis is taken for a long period of time", "luganda": "Ddoozi y'akafuba ennamba emiribwa okumala ebbanga ddene" }, { "english": "Women have to be empowered to access and carry out different activities", "luganda": "Abakyala balina okuweebwa omukisa okufuna n'okukola emirimu egy'enjawulo" }, { "english": "New health facilities have been established to improve medical services", "luganda": "Ebifo ebijjanjabibwamu ebibya bizimbiddwa okutumbula obuweereza bw'ebyobulamu." }, { "english": "The commissioner has served the people of Uganda very well", "luganda": "Omukungu aweerezza bannayuganda bulungi nnyo" }, { "english": "Let us applaud his contribution to the country", "luganda": "Ka tusiime byakoledde eggwanga" }, { "english": "General cleanliness is a basic requirement in every home.", "luganda": "Obuyonjo kintu ekikulu ekyetaagisa mu buli maka." }, { "english": "The cancer institute has done a very wonderful job.", "luganda": "Eddwaliro lya kkookolo likoze omulimu omusuffu ennyo." }, { "english": "Health workers will be given the support they need to find solutions for existing challenges.", "luganda": "Abasawo bajja kuweebwa obuyambi bwe beetaaga okusobola okumalawo okusoomoozebwa okuliwo." }, { "english": "New facilities will be established to assist in fighting specific medical problems.", "luganda": "Ebifo ebipya bijja kuzimbibwa okuyambako mu kulwanyisa endwadde ezimu." }, { "english": "Medicine will be manufactured locally which will ease accessibility.", "luganda": "Eddagala lya kukolebwa wano mu ggwanga ekinayanguya mu kulifuna." }, { "english": "The medical and the newspaper team are running health adverts this week.", "luganda": "Abasawo n'empapula z'amawulire zikolo bulango obukwata ku byobulamu wiiki eno." }, { "english": "People are being provided with knowledge about the disease", "luganda": "Abantu bali mu kuweebwa magezi ku bikwata ku bulwadde." }, { "english": "The medical body seeks to understand how citizens manage amidst having the disease.", "luganda": "Ekitongole ky'ebyobulamu kyetaaga okumanya engeri bannansi gye babeerawo n'obulwadde." }, { "english": "Citizens will be engaged to create a solution for disease control.", "luganda": "Bannansi bajja kwebuuzibwako okusobola okufuna engeri y'okuwonya obulwadde." }, { "english": "This kind of disease will be eradicated soon.", "luganda": "Ekika ky'obulwadde kino kijja kumalibwawo mangu." }, { "english": "Various efforts are being done to ensure improved medical statuses through sensitization.", "luganda": "Amaanyi ag'enjawulo gali mu kukolebwa okwongeza embeera z'ebyobulamu okuyita mu kusasaanya amawulire." }, { "english": "Our pharmacists will inform the public about how hardened some diseases are to drugs.", "luganda": "Abakugu mu by'eddagala bajja kutegeeza abantu engeri eddagala gye litasobola kukola ku ndwadde ezimu." }, { "english": "This disease affects mostly women in different ways.", "luganda": "Ekirwadde kino kisinga kukosa bakyala mu ngeri ez'enjawulo." }, { "english": "The facility established will mostly work on surgical operations.", "luganda": "Ekifo ekiteereddwawo kijja kusinga kukola ku kulongoosa." }, { "english": "Our medics are working hand in hand with centres for disease control.", "luganda": "Abasawo baffe bakolagana n'ebitongole ebiziyiza endwadde." }, { "english": "This type of cancer affects mostly women who have intercourse with multiple partners.", "luganda": "Ekika kya kkookolo kino kisinga kukosa bakyala abeegatta mu nsonga z'ekikulu n'ababeezi ab'enjawulo." }, { "english": "This disease has a number of complications.", "luganda": "Obulwadde buno buyina obuzibu bungi." }, { "english": "Malaria takes lives and affects pregnant women.", "luganda": "Omusujja gw'ensiri gutta abantu era gukosa abakyala b'embuto." }, { "english": "Have a joyful Saturday and Sunday.", "luganda": "Nkwagaliza olwomukaaga ne Sande ez'essanyu." }, { "english": "Various prevention measures have been put in place.", "luganda": "Engeri ez'enjawulo ez'okutangiramu obulwadde ziteekeddwawo." }, { "english": "The health summit will enforce strategies in order to tackle health challenges", "luganda": "Olukungaana lw'ebyobulamu lujja kuteeka essira ku kwenganga okusomoozebwa kw'ebyobulamu" }, { "english": "The ministry will do countrywide sensitization on Ebola prevention", "luganda": "Minisitule ejja kumanyisa eggwanga lyonna ku ngeri y'okutangiramu Ebola." }, { "english": "The ministry informed people about the importance of exercising", "luganda": "Minisitule yategeeza abantu ku bulungi bw'okukola dduyiro" }, { "english": "The dangers of this disease will be assessed and remedies will be provided.", "luganda": "Obulabe bw'endwadde eno bujja kwekenneenyezebwa era wabeerewo ekikolebwa." }, { "english": "People affected by ebola will be given continuous support.", "luganda": "Abantu abakoseddwa obulwadde bwa Ebola bajja kuweebwa obuyambi entakera." }, { "english": "Hepatitis can be prevented if one takes the three vaccines", "luganda": "Obulwadde bw'ekibumba busobola okutangirwa singa omuntu agemebwa emirundi esatu" }, { "english": "Uganda is safe and has no Ebola cases", "luganda": "Uganda eri bulungi era terina balwadde ba Ebola" }, { "english": "The minister calls upon people not to believe in false information running on social media", "luganda": "Minisita akubiriza abantu obutakkiririza mu mawulire ga kifere agatambulira ku mikutu gy'amawulire" }, { "english": "We shall not rest until people are free from malaria", "luganda": "Tetujja kuwummula okutuusa ng'abantu tebakyayina musujja gwa nsiri." }, { "english": "People in Africa are not bothered about the dangers associated with hepatitis", "luganda": "Abantu mu Africa tebeefiiriddeyo ku bulabe obuleetebwa obulwadde bw'ekibumba." }, { "english": "Ugandans should be careful because new cases have been found in Congo", "luganda": "Bannayuganda balina okwegendereza kubanga abalwadde abapya bazuuliddwa e Congo" }, { "english": "It is a very dangerous disease with dangerous symptoms", "luganda": "Ndwadde nkambwe nnyo erina n'obubonero bwayo bukambwe." }, { "english": "Parents should be educated on how to protect the girl child.", "luganda": "Abazadde balina okusomesebwa ku ngeri y'okukuumamu omwana ow'obuwala." }, { "english": "Ugandans should not be worried.", "luganda": "Bannayuganda tebalina kweralikirira." }, { "english": "People have acquired knowledge on how to protect themselves from this disease.", "luganda": "Abantu bafunye amagezi ku ngeri gye bayinza okwekuumamu ekirwadde kino." }, { "english": "The ministry wishes Ugandans a happy Easter holiday", "luganda": "Minisitule eyagaliza bannayuganda oluwummula lw'amazuukira olulungi" }, { "english": "Malaria is one of the killer diseases.", "luganda": "Omusujja gw'ensiri y'emu ku ndwadde zinnamutta." }, { "english": "Meetings provide a platform for planning ahead.", "luganda": "Enkungaana ziwa omwagaanya okutegeka eby'omu maaso." }, { "english": "The public needs to be educated about hepatitis.", "luganda": "Abantu beetaaga okusomesebwa ku bulwadde bw'ekibumba." }, { "english": "It is possible to completely deal away with certain diseases.", "luganda": "Kisoboka okwewalira ddala endwadde ezimu." }, { "english": "Health workers should be appreciated.", "luganda": "Abasawo balina okusiimibwa." }, { "english": "Motorcycles could be of great importance to the health sector.", "luganda": "Ppikipiki zandiba ez'omugaso ennyo mu kitongole ky'ebyobulamu." }, { "english": "Leaders should do inspections for follow up purposes.", "luganda": "Abakulembeze balina okulondoola emirimu okusobola okugoberera ebikolebwa." }, { "english": "What is the need for a scan in a hospital?", "luganda": "Kattivvi kalina bwetaavu ki mu ddwaliro ki?" }, { "english": "Nurses and midwives save lives.", "luganda": "Abasawo n'abazaalisa bataasa obulamu." }, { "english": "Fasting and prayer are part of the lifestyle of a good religious person.", "luganda": "Okusaba n'okusiiba kitundu ku neeyisa y'obulamu bw'omunnaddiini omulungi." }, { "english": "Media creates awareness to the public.", "luganda": "Emikutu gy'amawulire gimanyisa abantu." }, { "english": "Hospitals should improve child health.", "luganda": "Amalwaliro galina okulongoosa ebyobulamu by'abaana." }, { "english": "Nurses and midwives are now also recognised in the health sector.", "luganda": "Abasawo wamu n'abazaalisa kati bamanyikiddwa mu kitongole ky'ebyobulamu." }, { "english": "Institutes have now been accepted to train nurses.", "luganda": "Amatendekero kati gakkiriziddwa okutendeka abasawo." }, { "english": "Is it easy to cross from one country to another?", "luganda": "Kyangu okusala okuva mu ggwanga erimu okudda mu ddala?" }, { "english": "Health workers need regular health-related trainings.", "luganda": "Abasawo beetaga okutendekebwa ku byobulamu entakera." }, { "english": "Protection measures should be taken to prevent diseases.", "luganda": "Engeri ez'okwekuumamu ez'enjawulo zirina okuteekebwa mu nkola okusobola okuziyiza endwadde." }, { "english": "What do you know about the Ebola disease?", "luganda": "Ki ky'omanyi ku bulwadde bwa Ebola?" }, { "english": "Quality work derives satisfaction.", "luganda": "Omulimu omulungi guleeta obumativu." }, { "english": "Responsible leaders need to be awarded.", "luganda": "Abakulembeze ab'obuvunaanyizibwa basaana okusiimibwa." }, { "english": "Health service delivery is being improved.", "luganda": "Empeereza y'ebyobulamu eri mu kulongosebwa." }, { "english": "Do the needful to prevent diabetes.", "luganda": "Kola ekyetaagisa okutangira obulwadde bwa sukaali." }, { "english": "Health matters should be given priority.", "luganda": "Ensonga z'ebyobulamu zirina okukulembezebwa." }, { "english": "Ambulances carry patients to the hospital.", "luganda": "Emmotoka ezitambuza abalwadde zitwala abalwadde mu ddwaliro." }, { "english": "Leaders need to fight against corruption.", "luganda": "Abakulembeze beetaaga okulwanyisa enguzi." }, { "english": "Some insects transmit diseases.", "luganda": "Ebiwuka ebimu bitambuza endwadde." }, { "english": "How much do you know about hepatitis?", "luganda": "Omanyi kyenkana wa ku bulwadde bw'ekibumba?" }, { "english": "The dead are often remembered.", "luganda": "Abafu batera okujjukirwa." }, { "english": "What is food poisoning?", "luganda": "Emmere okukola obutwa kye ki?" }, { "english": "Accountability is a requisition for government organisations.", "luganda": "Ebitongole bya gavumenti birina okuwa embalirira." }, { "english": "Hospitals need sufficient equipment for efficient performance.", "luganda": "Amalwaliro geetaaga ebikozesebwa ebimala okusobola okukola obulungi." }, { "english": "Tobacco is very dangerous to our health.", "luganda": "Taaba wa bulabe nnyo eri obulamu bwaffe." }, { "english": "Nation resources are rightfully accessed by nationals.", "luganda": "Bannansi bafuna ebyetaago mu ngeri entuufu." }, { "english": "The future of the girl child is vital to the nation.", "luganda": "Ebiseera by'omu maaso eby'omwana omuwala bya mugaso eri eggwanga." }, { "english": "Exhibitions at times avail free services for the public.", "luganda": "Emyoleso olumu gituusa ku bantu empeereza ey'obwereere." }, { "english": "Everyone should respect each other's religion and norms.", "luganda": "Buli muntu alina okussa ekitiibwa mu ddiini n'obulombolombo bw'abalala." }, { "english": "Men ought to take full responsibility for their families.", "luganda": "Abaami balina okutwala obuvunaanyibwa bwonna obw'amaka gaabwe." }, { "english": "Seek out for information regarding health matters.", "luganda": "Noonya obubaka obukwata ku byobulamu." }, { "english": "People love free services.", "luganda": "Abantu baagala eby'obwerere." }, { "english": "Are all diseases immunizable?", "luganda": "Endwadde zonna zigemebwa?" }, { "english": "Join the effort to widen awareness of viral diseases.", "luganda": "Weegatte ku kaweefube w'okumanyisa ku ndwadde ezitambuzibwa obuwuka." }, { "english": "Is tobacco really that dangerous?", "luganda": "Ddala taaba wa bulabe ekiri awo?" }, { "english": "Soldiers and health workers need to be recognised for their tireless effort.", "luganda": "Abasirikale n'abasawo beetaaga okusiimibwa olw'omulimu ogw'obutaweera gwe bakola." }, { "english": "Media information is a better trusted source.", "luganda": "Emikutu gy'amawulire gyesigika nnyo." }, { "english": "Viral infections exist among us.", "luganda": "Endwadde ezisaasaanyizibwa obuwuka mweziri mu ffe." }, { "english": "How can a nation-best prepare itself against diseases?", "luganda": "Eggwanga liyinza kwetegeka litya obulungi okulwanyisa endwadde?" }, { "english": "Information is very important.", "luganda": "Obubaka bwa mugaso nnyo." }, { "english": "Infected patients need to be isolated to avoid contacts with the uninfected.", "luganda": "Abalwadde balina okwawulibwa okwewala okutabagana n'abatali balwadde." }, { "english": "Ebola is a killer disease.", "luganda": "Ebola ndwadde nnamutta." }, { "english": "The dead should be buried safely.", "luganda": "Abafu balina okuziikibwa obulungi." }, { "english": "Do government organisations also need donations?", "luganda": "Ebitongole bya gavumenti nabyo byetaaga obuyambi?" }, { "english": "Every disease has signs and symptoms that indicate its presence in one's body.", "luganda": "Buli bulwadde bulina obubonero obubulaga nti buli mu mubiri gw'omuntu." }, { "english": "Washing hands with soap is one way of preventing diseases.", "luganda": "Okunaaba mu ngalo ne sabbuuni y'emu ku ngeri y'okuziyizaamu endwadde." }, { "english": "If not vaccinated against chances are one can easily be infected with the disease.", "luganda": "Emikisa gy'omuntu atagameddwa okufuna endwadde giri waggulu." }, { "english": "Avoid information from untrusted sources like rumours.", "luganda": "Weewale amawulire agava ku mikutu egiteesigika nga engambo." }, { "english": "The youths in school should be acknowledged about their health-related issues.", "luganda": "Abavubuka abali mu masomero balina okumanyisibwa ku nsonga ezikwata ku bulamu bwabwe." }, { "english": "Ebola vaccines are available to the community.", "luganda": "Eddagala erigema Ebola weeriri mu bitundu byaffe." }, { "english": "Great effort deserves recognition and appreciation.", "luganda": "Okukola ennyo kusaana okutenderezebwa n'okusiimibwa" }, { "english": "Some diseases can be cured and prevented.", "luganda": "Endwadde ezimu zisobola okuwonyezebwa n'okuziyizibwa." }, { "english": "Couples are now advised to test for sickle cells disease before getting married.", "luganda": "Abaagalana baweebwa amagezi okwekebeza nnalubiri nga tebannafumbiriganwa." }, { "english": "Disease outbreaks can be mitigated through community engagement.", "luganda": "Okubalukawo kw'endwadde kusobola okukeendezebwa ng'abantu bakwenyigiddemu." }, { "english": "It is possible for one to be healthy and disease-free.", "luganda": "Kisoboka omuntu okuba omulamu nga talina bulwadde." }, { "english": "Ones' health status is his or her responsibility.", "luganda": "Embeera y'obulamu bw'omuntu buvunaanyizibwa bwe." }, { "english": "Vaccination helps prevent diseases.", "luganda": "Okugema kuyamba okuziyiza endwadde." }, { "english": "Leaders should take effort in fighting against non-communicable diseases.", "luganda": "Abakulembeze balina okufaayo okulwanyisa endwadde ezitasobola kusiigibwa balala." }, { "english": "Media is a trusted source of information.", "luganda": "Amawulire mukutu gwa bubaka ogwesigika." }, { "english": "Community engagement is very crucial in fighting against some diseases.", "luganda": "Okwenyigiramu kw'abantu kya mugaso nnyo mu kulwanyisa endwadde ezimu." }, { "english": "Every hospital must have had an ambulance.", "luganda": "Buli ddwaliro lyandibadde n'emmotoka etambuza abalwadde abayi." }, { "english": "Community engagement in health matters should be advocated for.", "luganda": "Abantu balina okukubirizibwa okwenyigira mu byobulamu." }, { "english": "What is the purpose of health insurance?", "luganda": "Yinsuwa y'ebyobulamu ya mugaso ki?" }, { "english": "We should all join the effort in fighting non-communicable diseases.", "luganda": "Tulina ffena okwegatta mu kulwanyisa obulwadde obutasiiga kuva ku muntu omu okudda ku mulala." }, { "english": "Non-communicable diseases exist among people in the community.", "luganda": "Endwadde ezitasiiga kuva ku muntu omu okudda ku mulala gyeziri mu bantu mu bitundu." }, { "english": "A laboratory is a place where experiments are made.", "luganda": "Ekkeberero kifo okugezesebwa gye kukolebwa." }, { "english": "Water is of great importance in our day to day life.", "luganda": "Amazzi ga mugaso nnyo mu bulamu bwaffe obwa bulijjo." }, { "english": "Media is one of the channels for creating awareness to the public.", "luganda": "Empuliziganya gumu ku mikutu gw'okubunyisa amawulire mu bantu." }, { "english": "Medical treatments lower the risk of the disease spread.", "luganda": "Obujjanjabi bukendeeza akatyabaga k'okusaasaanya obulwadde." }, { "english": "Personal hygiene is one of the ways to avoid the spread of diseases.", "luganda": "Obuyonjo y'emu ku ngeri ey'okutangira okusaasaana kw'endwadde." }, { "english": "Technological advancement has been of great benefit to in the medical sector.", "luganda": "Obuyiiya mu bya tekonologiya bubadde bwa mugaso nnyo mu kisaawe ky'ebyobulamu." }, { "english": "Viral diseases are a risk to the community.", "luganda": "Obulwadde obusaasaanyizibwa obuwuka bwa bulabe eri abantu." }, { "english": "Sports activities are best done in sportswear.", "luganda": "Ebyemizannyo bisinga kukolebwa mu ngoye z'ebyemizannyo." }, { "english": "Kids love to play games.", "luganda": "Abaana baagala okuzannya emizannyo." }, { "english": "Does aerobics really help one to keep fit?", "luganda": "Ddala kituufu dduyiro ayamba omuntu okukuuma omubiri?" }, { "english": "Everyone is responsible for their healthy wellbeing.", "luganda": "Buli omu avunaanyizibwa ku bulamu bwe okubeera obulungi." }, { "english": "The public has a right to participate in national activities.", "luganda": "Abantu balina eddembe okwetaba mu mirimu gy'eggwanga." }, { "english": "Every nation has at least a day to celebrate.", "luganda": "Buli ggwanga lirinayo wakiri olunaku olw'okujjaguza." }, { "english": "The public needs awareness on how to maintain a healthy body.", "luganda": "Abantu beetaaga okumanyisibwa ku ngeri y'okukuumamu emibiri nga miramu" }, { "english": "Companies are fond of corporate social responsibility.", "luganda": "Kkamupi zitera okutuukiriza ouvunaanyizibwa obw'awamu." }, { "english": "Patients need confirmation from doctors on what kind of disease they are suffering from.", "luganda": "Abalwadde beetaaga okumanyisibwa okuva eri abasawo ku kika ky'obulwadde obubaluma." }, { "english": "Hospitals are very important facilities in the community.", "luganda": "Amalwaliro bifo bya mugaso nnyo mu kitundu." }, { "english": "Unhygienic behaviours can often result in disease spread.", "luganda": "Eneeyisa etali ya buyonjo esobola okuvaamu obulwadde okusaasaana." }, { "english": "Not all rumours are true.", "luganda": "Engambo zonna si ntuufu." }, { "english": "Contact with a recovered Ebola patient puts you at risk of contracting the disease.", "luganda": "Okusemberera omuntu awonye Ebola kikuteeka mu katyabaga k'okufuna ekirwadde." }, { "english": "Ebola is a viral disease that can easily spread.", "luganda": "Ebola bulwadde obutambuzibwa akawuka obusobola okusaasaanyizibwa amangu." }, { "english": "Prevention is usually better than cure.", "luganda": "Okutangira bulijjo kusinga okuwonya." }, { "english": "Every disease has its own signs and symptoms.", "luganda": "Buli bulwadde bulina obubonero bwabwo." }, { "english": "National leaders are responsible for the healthy wellbeing of fellow nationals.", "luganda": "Abakulembeze b'amawanga bavunaanyizibwa ku byobulamu ebirungi bya bannansi bannaabwe." }, { "english": "Avoid contact with disease-infected people to prevent the spread of certain diseases.", "luganda": "Weewale okwetaba n'abantu abalwadde okwewala okusaasaana kw'endwadde ezimu." }, { "english": "Educate communities about the existing diseases.", "luganda": "Somesa abantu ku ndwadde eziriwo." }, { "english": "Cholera can spread very fast in the community.", "luganda": "Kkolera asobola okusaasaana mangu nnyo mu kitundu" }, { "english": "It is wise to protect yourself against disease while it's still early.", "luganda": "Kya magezi okwetangira obulwadde nga bukyali." }, { "english": "Many Ugandans would be so disciplined if coronavirus was like Ebola.", "luganda": "Bannayuganda bangi bandibadde n'empisa singa akawuka ka kolona kaali nga Ebola." }, { "english": "Uganda is always on high alert when it comes to diseases like Ebola.", "luganda": "Uganda eri ku bwerinde obwa waggulu bwe kituuka ku ndwadde nga Ebola." }, { "english": "There will be a mass vaccination campaign in Uganda.", "luganda": "Wajja kubaawo enteekateeka y'okugema okw'ekikungo mu Uganda." }, { "english": "Male partners can attend antenatal care as a way to support pregnant mothers.", "luganda": "Abaami basobola okubeera mu bifo ab'embuto we banywera eddagala ng'engeri y'okuyambako bamaama ab'embuto." }, { "english": "There is no political or religious affiliation when it comes to health.", "luganda": "Bwe kituuka ku byobulamu tetufa ku byabufuzi oba ku nzikiriza." }, { "english": "Buganda kingdom is being praised for its participation in raising awareness against sickle cells", "luganda": "Obwakabaka bwa Buganda bwebazibwa olw'okwenyigra mu kusaasaanya amawulire g'okulwanyisa nnalubiri." }, { "english": "Parliament officials have been denied access to the International Specialized Hospital.", "luganda": "Abakungu ba paalamenti bagaaniddwa okuyingira mu ddwaliro lya International specialized Hospital." }, { "english": "We need to create a conducive environment for feeding mothers at parliament.", "luganda": "Twetaaga okuteekawo ekifo ekirungi ekya bamaama abayonsa ku paalamenti" }, { "english": "Staff recruitment was strictly by merit and given to those who passed interviews.", "luganda": "Okuyingiza abakozi kw'akoleddwa okusinziira ku busobozi era gyaweereddwa abo abaayise okugezesebwa." }, { "english": "Wishing all Muslims a happy Eid", "luganda": "Twagaliza abasiraamu bonna Eid ey'essanyu" }, { "english": "Medical interns are being admitted to the internship training program", "luganda": "Abayizi abali mu kugezesebwa mu busawo bawandiisibwa ku nteekateeka z'okugezesebwa" }, { "english": "Women and young adults are advised to take on family planning methods.", "luganda": "Abakyala n'abaana abakula bakubiriziddwa okukozesa enkola za kizaalaggumba." }, { "english": "A memorandum has been signed to promote cooperation in Health.", "luganda": "Enzikiriziganya eteekeddwako omukono okutumbula enkolagana mu byobulamu." }, { "english": "There will be training on how to do health sensitization using social media.", "luganda": "Wajja kubaawo okutendekebwa ku ngeri y'okubunyisaamu amawulire ku byobulamu ku mikutu emigattabantu." }, { "english": "Ugandan men play an important role in reproductive decisions.", "luganda": "Abasajja abannayuganda bakola omulimu munene mu kusalawo mu byokuzaala." }, { "english": "An Executive director has been congratulated upon securing the leadership role.", "luganda": "Nankulu ayozaayozeddwa olw'okufuna ekifo ky'obukulembeze." }, { "english": "Menstrual hygiene is essential for girls to be able to participate in schools.", "luganda": "Obuyonjo mu bakyala nga bali mu nsonga kikulu nnyo eri abawala okusobola okubeera mu masomero." }, { "english": "There is another senior leadership retreat in the health sector.", "luganda": "Waliwo olusirika olulala olw'abakugu mu byobulamu." }, { "english": "There is need to expand the emergency unit because of the increasing number of patients.", "luganda": "Waliwo obwetaavu bw'okugaziya ebifo awatuukira abayi olw'omuwendo gw'abalwadde abeeyongera." }, { "english": "Upgrading the health centre will mitigate congestion in general hospitals", "luganda": "Okuddaabiriza amalwaliro g'ebitundu kijja kukendeeza omujjuzo mu malwaliro amanene" }, { "english": "Challenges faced in the quality of service delivery to pregnant mothers is being investigated.", "luganda": "Okusoomoozebwa okusangibwa mu buweeereza bwa bamaama ab'embuto kunoonyerezebwako." }, { "english": "Abstracts are needed for the national Health promotion conference.", "luganda": "Ebinokole byetaagibwa olw'olukiiko olutumbula ebyobulamu mu ggwanga." }, { "english": "A plan for health security has been launched in Uganda.", "luganda": "Enteekateeka z'okukuuma ebyobulamu zitongozeddwa mu Uganda." }, { "english": "Uganda received a thermoscanner that will be positioned at the airport.", "luganda": "Uganda yafunye akuuma akakebera ebbugumu akajja okuteekebwa ku kisaawe ky'ennyonyi." }, { "english": "The American embassy is appreciated for its contribution towards the health of Ugandans", "luganda": "Ekitebe kya America mu Uganda kisiimiddwa olw'obuyambi bwakyo eri ebyobulamu bwa Uganda." }, { "english": "Kawempe hospital is being discussed on a radio program", "luganda": "Eddwaliro ly'e Kawempe likubaganyizibwako ebirowoozo ku pulogulaamu ya laadiyo." }, { "english": "Ugandans are urged to join the blood donation cause.", "luganda": "Bannayuganda bakubirizibwa okwegatta ku mulanga gw'okugaba omusaayi." }, { "english": "A donation plan has been launched with Rotarian malaria partners.", "luganda": "Enteekateeka y'obuyambi etongozeddwa ne bannamukago ba lotale abalwanyisa omusujja gw'ensiri." }, { "english": "A jigger treatment lotion will be made by the Saraya company.", "luganda": "Loosoni ejjanjaba envunza ejja kukolebwa kkampuni ya Saraya." }, { "english": "More specialists are being trained to reduce both referrals abroad and mortality rates.", "luganda": "Abakugu abalala batendekebwa okukendeeza ku kutwala abalwadde ebweru w'eggwanga n'abaana abafa nga bato." }, { "english": "Sanitary towels are being made out of sugarcane residues in Uganda.", "luganda": "Ppamba w'ekikyala akolebwa mu bisigalira by'ebikajjo wano mu Uganda." }, { "english": "Discussions are ongoing on how to implement solutions against disease outbreaks.", "luganda": "Enteesaganya zigenda mu maaso ku ngeri y'okwewalamu ebirwadde ebibalukawo." }, { "english": "lessons learnt are being revised to improve Ebola preparedness.", "luganda": "Essomo eriyigiddwa lyetegerezebwa okulongoosa ku kwetegekera Ebola." }, { "english": "Uganda has an Ebola case confirmed in Kasese district", "luganda": "Uganda erina omulwadde wa Ebola eyakakasibwa okuva mu disitulikiti y'e Kasese." }, { "english": "Vomiting and bleeding from openings are some of the signs of Ebola.", "luganda": "Okusesema n'okuvaamu omusaayi okuva mu buli katuli k'omubiri bumu ku bubonero bwa Ebola." }, { "english": "The new board of directors for Soroti referral hospital have been inaugurated.", "luganda": "Olukiiko olw'oku ntikko oluggya olw'eddwaliro ekkulu e Soroti lulayiziddwa." }, { "english": "A female from Congo that was confirmed to have Ebola virus has passed on.", "luganda": "Omukyala okuva e Congo eyakakasibwa okuba n'obulwadde bwa Ebola afudde." }, { "english": "A professor has been congratulated on winning the health award", "luganda": "Pulofeesa ayozaayozeddwa olw'okuwangula omudaali gw'ebyobulamu." }, { "english": "Health workers have been named heroes for subjecting individuals to handwashing and screening.", "luganda": "Abasawo batuumiddwa abazira olw'okukubiriza abantu okunaaba mu ngalo n'okwekebeza." }, { "english": "Poor communication between men and women could lead to failed family planning methods.", "luganda": "Empuliziganya embi wakati w'abaami n'abakyala eyinza okuleeta okulemesa enkola za kizaalaggumba." }, { "english": "A booster dose of oral Polio vaccine will be given to all children under five.", "luganda": "Ddoozi ya ppooliyo ey'omu kamwa eyongera amaanyi ejja kuweebwa abaana bonna abali wansi w'emyaka etaano." }, { "english": "Interventions have been put in place to address the outbreak of cholera.", "luganda": "Kaweefube ateekeddwawo okwengaanga okubalukawo kw'ekirwadde kya kkolera." }, { "english": "The Health Ministry continues to advocate for a malaria-free country.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu ekyagenda mu maaso ne kaweefube w'okumalirawo ddala omusujja gw'ensiri mu ggwanga." }, { "english": "There is an improvement in the transportation of blood samples.", "luganda": "Waliwo okutereezebwa mu ntambuza ya sampolo z'omusaayi." }, { "english": "A company is being appreciated for its contribution towards improving maternity services for females.", "luganda": "Kkampuni yeebazibwa olw'okukola ennyo okutumbula embeera abakyala mwe bazaalira." }, { "english": "Submit your abstract for the national health Promotion conference.", "luganda": "Waayo ebirowoozo byo eby'olukiiko olubunyisa ebyobulamu mu ggwanga lyonna." }, { "english": "Abstinence should be practised to delay the first pregnancy", "luganda": "Obuteegatta kirina okuteekebwa mu nkola okulwisaawo okufuna olubuto olusooka." }, { "english": "The Household head has a role in disease prevention", "luganda": "Akulira amaka alina obuvunaanyizibwa mu kutangira ensaasaana y'obulwadde." }, { "english": "The country is preparing for a Measles-Rubella free community", "luganda": "Eggwanga liteekateeka okumalawo Olukusense-Kikutiya mu bantu" }, { "english": "Activities to ensure a healthy population are being advised by the Ministry of Health", "luganda": "Ebintu by'okutumbula obulamu mu banti bikolebwako minisitule y'ebyobulamu." }, { "english": "Discussions on Ebola human immunodeficiency virus and Malaria are underway.", "luganda": "Okukubaganya ebirowoozo ku Ebola akawuka akaleeta mukenenya n'omusujja gw'ensiri biri mu nteekateeka." }, { "english": "Family planning services will be offered to females and adolescents in Northern Uganda.", "luganda": "Obuweereza bw'ekizaalaggumba bujja kuweebwa abakyala n'abaana abavubuka mu bukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "There is a growth of Palliative care and access to controlled medicines in Uganda.", "luganda": "Waliwo okugenda mu maaso ku kulwanyisa ensaasaana y'obulwadde n'obwangu okufuna eddagala eryetaagisa mu Uganda." }, { "english": "People in the Northern region need free health services like family planning and HIV testing.", "luganda": "Abantu b'omu bukiikakkono beetaga okufuna ebyobulamu eby'obwereere nga enkola y'ekizaalaggumba n'okukeberebwa akawuka akaleeta mukeenenya." }, { "english": "The United Nations General Assembly continues to do its work in Uganda.", "luganda": "Olukiiko lw'omukago ogutaba ensi zonna lukyagenda mu maaso okukola omulimu gwalwo mu Uganda." }, { "english": "Play your part to fight Non-Communicable Diseases", "luganda": "Tuukiriza obuvunaanyizibwa bwo okulwanyisa obulwadde obutasiigibwa okuva ku muntu omu okudda ku mulala" }, { "english": "A roadmap to Universal Health Coverage has been developed", "luganda": "Olugendo olututuusa ku kwetegereza ebyobulamu eby'awamu lutongozeddwa" }, { "english": "The nationwide health sensitization program will be launched", "luganda": "Okusomesa eggwanga lyonna ku byobulamu kujja kutongozebwa" }, { "english": "A new maternity centre will be built in a district in Uganda", "luganda": "Ekifo ekizaalirwamu ekipya kijja kuzimbibwa mu disitulikiti emu mu Uganda" }, { "english": "Government has decided to support farmers in the northern part of Uganda.", "luganda": "Gavumenti esazeewo okuyambako abalimi mu bitundu by'obukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "When is Uganda's independence?", "luganda": "Ameefuga ga Uganda ga ddi?" }, { "english": "Refugees should be allowed to come into the country.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu balina okukkirizibwa okujja mu ggwanga." }, { "english": "People in Uganda are now forging national identity cards.", "luganda": "Abantu mu Uganda kati bajingirira endagamuntu." }, { "english": "A well-built septic tank shouldn't be a threat to anyone.", "luganda": "Ekinnya kya kazambi tekirina kweraliikiriza muntu yenna." }, { "english": "There is a rise in theft and killings in the rural parts of the country.", "luganda": "Obubbi n'okutta byeyongedde mu bitundu by'eggwanga eby'omu byalo." }, { "english": "The widow takes half of the deceased's property.", "luganda": "Nnamwandu atwala ekitundu ku bintu by'omugenzi." }, { "english": "A person can go to exile either by force or willingly.", "luganda": "Omuntu asobola okugenda mu buwanganguse ng'akakiddwa oba nga yeeyagalidde." }, { "english": "Creating jobs for Ugandans by building factories is good for Uganda.", "luganda": "Okutonderawo bannayuganda emirimu nga bazimba amakolero kirungi eri Uganda." }, { "english": "The government tries to intervene when media companies publish false news.", "luganda": "Gavumenti egezaako okuvaayo nga kkampuni z'amawulire zifulumya amawulire amafu." }, { "english": "Protecting human rights has many benefits.", "luganda": "Okukuuma eddembe ly'obuntu kirina emiganyulo mingi." }, { "english": "It is very hard to survive a highway car accident", "luganda": "Kibeera kizibu nnyo okuwona akabenje k'emmotoka ku luguudo lwa mwasanjala." }, { "english": "There are some concerning issues with our law system", "luganda": "Waliwo ensonga ezimu ezeekuusa ku nkola y'amateeka gaffe." }, { "english": "With this new machinery road construction will become easier.", "luganda": "Okukola enguudo kujja kwanguwa olwa kino ekyuma ekipya." }, { "english": "Members of parliament are always requesting for money.", "luganda": "Ababaka ba paalamenti buli kaseera basaba ssente." }, { "english": "Members of Parliament can decide either to support or not to support the motion.", "luganda": "Ababaka ba paalamenti basobola okusalawo okuwagira oba obutawagira kiteeso." }, { "english": "The government wants to construct a big hospital where students can also study.", "luganda": "Gavumenti eyagala okuzimba ddwaliro ddene abayizi nabo gye bayinza okusomera." }, { "english": "In Uganda nobody is above the law.", "luganda": "Mu Uganda tewali ali waggulu w'amateeka." }, { "english": "Having swimming pools at home is dangerous.", "luganda": "Okubeera n'ekidiba omuwugirwa ewaka kya bulabe." }, { "english": "The matter is still in court.", "luganda": "Ensongo ekyali mu kkooti." }, { "english": "The government is looking for other ways to get taxes.", "luganda": "Gavumenti enoonya ngeri ndala za kufunamu misolo." }, { "english": "Parents are advised to protect their children from strangers.", "luganda": "Abazadde baweebwa amagezi okukuuma abaana baabwe okuva eri abalabe." }, { "english": "The royal family is involved in some land wrangles.", "luganda": "Olulyo olulangira luli mu nkaayana za ttaka." }, { "english": "Ugandan laws are usually not put into action.", "luganda": "Amateeka ga Uganda tegatera kuteekebwa mu nkola." }, { "english": "It is good to read newspapers on a daily basis.", "luganda": "Kirungi okusoma empapula z'amawulire buli lunaku." }, { "english": "During the lockdown it was hard for people to travel back to Uganda.", "luganda": "Mu biseera by'omuggalo kyali kizibu abantu okudda mu Uganda." }, { "english": "Nowadays married women like spending time with rich men instead of their husbands.", "luganda": "Ennaku zino abakyala abafumbo baagala okumala obudde n'abasajja abagagga okusinga ba bba baabwe." }, { "english": "Many girls are taken to Arab nations illegally.", "luganda": "Abawala bangi batwalibwa mu mawanga g'Abawalabu mu bumenyi bw'amateeka." }, { "english": "A soldier's life is different from a civilian's life.", "luganda": "Obulamu bw'omusirikale bwa njawulo ku bw'omuntu wa bulijjo." }, { "english": "Uganda's security has improved due to the installation of cameras.", "luganda": "Ebyokwerinda bya Uganda byeyongedde olw'okuteekawo kkamera." }, { "english": "There is illegal selling of body parts in government hospitals.", "luganda": "Waliwo okutunda ebitundu by'omubiri okutali mu mateeka mu malwaliro ga gavumenti." }, { "english": "In order to be safe you should never stay on mountain slopes.", "luganda": "Okusobola okubeera obulungi tolina kubeera kumpi na nsozi." }, { "english": "New cities are being created in the country to improve on service delivery.", "luganda": "Ebibuga ebiggya biri mu kutondebwawo mu ggwanga okusobola okutumbula obuweereza." }, { "english": "There is a relationship between Uganda and Israel.", "luganda": "Waliwo enkolagana wakati wa Uganda ne Israel." }, { "english": "Every year the government gives a huge sum of money to political parties.", "luganda": "Buli mwaka gavumenti ewa ebibiina by'ebyobufuzi ssente nnyingi nnyo." }, { "english": "Government has been in land wrangles for a long time.", "luganda": "Gavumenti ebadde mu nkaayana z'ettaka okumala ebbanga eriwerako." }, { "english": "I still have faith in Uganda's court system.", "luganda": "Nkyalina okukkiriza mu nkola ya kkooti za Uganda." }, { "english": "The youth were encouraged to work hard in order to earn a living.", "luganda": "Abavubuka baakubirizibwa okukola ennyo okusobola okufuna ssente." }, { "english": "You need to hand over power to another person.", "luganda": "Weetaaga okuwaayo obuyinza eri omuntu omulala." }, { "english": "The sanitation in Makerere university is lacking lately.", "luganda": "Obuyonjo mu ssetendekero wa Makerere bubulamu ennaku zino." }, { "english": "Most people buy newspapers after reading some interesting headlines.", "luganda": "Abantu bangi bagula empapula z'amawulire oluvannyuma lw'okusoma emitwe eginyuma." }, { "english": "The government should strengthen the police force in order to reduce crime.", "luganda": "Gavumenti yeetaaga okwongera amaanyi mu poliisi okusobola okukendeeza ku buzzi bw'emisango." }, { "english": "When you get old you are expected to retire.", "luganda": "Bw'okaddiwa osuubirwa okuwummula." }, { "english": "if you are innocent the police are obligated to release you.", "luganda": "Bw'oba toilna musango poliisi kigikakatako okukuta." }, { "english": "A new political party has been formed in Uganda with new colours and symbols.", "luganda": "Ekibiina ky'ebyobufuzi ekiggya kigunjiddwawo mu Uganda ne langi empya n'obubonero." }, { "english": "People will not be allowed to get half of their savings until they retire.", "luganda": "Abantu tebajja kukkirizibwa kufuna kitundu ku ssente ze batereka okutuusa nga bawummudde ku mirimu." }, { "english": "We need to celebrate this day.", "luganda": "Twetaaga okujaguza olunaku luno." }, { "english": "Borders are going to be closed.", "luganda": "Ensalo zigenda kuggalwa." }, { "english": "Disagreements can always be solved.", "luganda": "Obutakkaanya bulijjo busobola okugonjoolwa ." }, { "english": "Youths are now forming criminal gangs to torture civilians.", "luganda": "Abavubuka kati bagunjaawo bibinja mwe baddiza emisango okutulugunya abantu ba bulijjo." }, { "english": "People committing crimes are increasing each year.", "luganda": "Abantu abazza emisango beeyongera buli mwaka." }, { "english": "There are still loopholes in the registration of sim cards.", "luganda": "Wakyaliwo emiwaatwa mu kuwandiisa layini z'amasimu." }, { "english": "Let us wait for the judge's ruling.", "luganda": "Ka tulinde ensala y'omulamuzi." }, { "english": "People with HIV are reminded to pick their medicine on time.", "luganda": "Abantu abalina akawuka akaleeta mukenenya bajjukizibwa okukima eddagala lyabwe mu budde." }, { "english": "The role of the police is to keep law and order.", "luganda": "Omulimu gwa poliisi gwa kukuuma mateeka n'ebiragiro." }, { "english": "Many people have been hurt by the police while it enforces law and order.", "luganda": "Abantu bangi balumiziddwa nga poliisi eteekesa mu nkola amateeka n'ebiragiro." }, { "english": "By attending bride and groom events you get exposed to new things.", "luganda": "Okugenda ku mukolo gw'embaga omanya ebintu ebipya bingi." }, { "english": "Newspapers can be bought anywhere and their prices are low.", "luganda": "Empapula z'amawulire zisobola okugulibwa awantu wonna era n'ebbeeyi yaago eri wansi." }, { "english": "Heavy rains destroyed people's property.", "luganda": "Enkuba ennyingi eyonoona ebintu by'abantu." }, { "english": "Good builders need good quality construction materials to build a good house.", "luganda": "Abazimbi abalungi beetaaga ebizimbisibwa eby'omutindo omulungi okuzimba ennyumba ennungi." }, { "english": "Various people have different opinions concerning relationships.", "luganda": "Abantu ab'enjawulo balina endowooza ez'enjawulo bwe kituuka ku by'omukwano." }, { "english": "When is the next football match?", "luganda": "Omupiira oguddako gwa ddi?" }, { "english": "There is more stability in Uganda than in other countries.", "luganda": "Mu Uganda mulimu obutebenkevu bungi okusinga mu mawanga amalala." }, { "english": "the Uganda Martyrs that were killed were not only from the Buganda region", "luganda": "Abajulizi ba Uganda abattibwa baali tebava mu kitundu kya Buganda kyokka." }, { "english": "Uganda is the least developed country in East Africa.", "luganda": "Uganda y'ensi esinga okuba emabega mu by'enkulaakulana mu East Africa." }, { "english": "Because of poverty parents are no longer providing the best for their children.", "luganda": "Olw'obwavu abazadde tebakyayinza kuwa baana baabwe ekyo ekisingayo." }, { "english": "Landlords in Kampala are to start paying taxes for their houses.", "luganda": "Bannannyini mayumba baakutandika okusasulira amayumba gaabwe emisolo." }, { "english": "Doctors in private hospitals get better salaries than those in government hospitals.", "luganda": "Abasawo mu malwaliro ag'obwannannyini bafuna emisaala emirungi okusinga abo abali mu ga gavumenti." }, { "english": "Government has decided to increase the salaries of teachers.", "luganda": "Gavumenti esazeewo okwongeza emisaala gy'abasomesa." }, { "english": "Uganda Martyrs day is highly celebrated in Uganda.", "luganda": "Olunaku lw'abajulizi ba Uganda lukuzibwa nnyo mu Uganda." }, { "english": "Cutting down trees on a large scale is very dangerous.", "luganda": "Okutema emiti mu bungi kya bulabe nnyo." }, { "english": "I can't buy newspapers.", "luganda": "Sisobola kugula mpapula z'amawulire." }, { "english": "The former prime minister will be buried today.", "luganda": "Eyaliko ssaabaminisita wa kuziikibwa leero." }, { "english": "The deceased's relatives can decide where to bury their loved one.", "luganda": "Abooluganda b'omufu basobola okusalawo ew'okuziika omwagalwa waabwe." }, { "english": "Murders are on the increase in the neighbourhood", "luganda": "Obutemu bweyongedde ku muliraano." }, { "english": "The government is going to start checking the quality of food sold to people.", "luganda": "Gavumenti egenda kutandika okukebera mutindo gw'emmere eguzibwa abantu." }, { "english": "Wishing someone a good holiday just shows you care.", "luganda": "Okwagaliza omuntu oluwummula olulungi kiraga nti ofaayo." }, { "english": "Due to the coronavirus all worshipping places were closed", "luganda": "Olw'akawuka ka kolona amasinzizo gonna gaggalwawo." }, { "english": "Uganda has a lot of nice places for tourists.", "luganda": "Uganda erina ebifo by'abalambuzi ebirungi bingi." }, { "english": "Religious leaders are having a misunderstanding.", "luganda": "Abakulembeze b'enzikiriza balina obutategeeragana." }, { "english": "Heavy rains can lead to the collapse of poorly constructed bridges.", "luganda": "Enkuba ennyingi esobola okuviirako okwonooneka kw'entindo ezaazimbibwa obubi." }, { "english": "The government has the power to influence activities in all organisations.", "luganda": "Gavumenti erina obuyinza okusalawo enzirukanya y'emirimu mu bitongole byonna." }, { "english": "The government is trying to keep the city centre clean.", "luganda": "Gavumenti egezaako okukuuma amasekkati g'ekibuga nga mayonjo." }, { "english": "Marriage has it is good and bad.", "luganda": "Obufumbo bulina ebirungi byabwo n'ebibi." }, { "english": "Women and girls need protection from the government.", "luganda": "Abakyala n'abawala beetaaga obukuumi okuva mu gavumenti." }, { "english": "You build your house in a swamp or forest at your own risk.", "luganda": "Ozimba ennyumba yo mu kitoogo oba mu kibira ku lulwo." }, { "english": "There is a lot of talk about the presidential address.", "luganda": "Ebyogerebwa bingi ku kwogera kwa pulezidenti." }, { "english": "Ugandan companies also want to get huge construction projects from the government.", "luganda": "Kkampuni za Uganda nazo zaagala okufuna pulojekiti z'okuzimba ennene okuva mu gavumenti." }, { "english": "Kampala should not have street children around the city centre begging for money.", "luganda": "Kampala terina kubaamu baana ba ku nguudo mu makkati gaayo nga basabiriza ssente." }, { "english": "To get the latest updates around Uganda you have to listen to the radio.", "luganda": "Okufuna ebyakagwawo okwetoloola Uganda olina kuwuliriza laadiyo." }, { "english": "The construction of a dam on Murchison Falls has been put on hold.", "luganda": "Okuzimba ebbibiro ku Murchison Falls kuyimiriziddwa." }, { "english": "Uganda gets more money from foreign organisations than from its taxes.", "luganda": "Uganda efuna ensimbi nnyingi okuva mu bitongole by'ensi z'ebweru okusinga eziva mu misolo gyayo." }, { "english": "The public should be aware of another Ebola outbreak.", "luganda": "Abantu balina okuba nga bamanyi ku kubalukawo kwa Ebola okulala." }, { "english": "Without a king the kingdom can never be stable.", "luganda": "Awatali kabaka obwakabaka tebusobola kutebenkera." }, { "english": "Government has decided to register all people with personal guns.", "luganda": "Gavumenti esazeewo okuwandiika abantu bonna abalina emmundu ez'obwannannyini." }, { "english": "To get the latest updates around Kampala you have to read newspapers.", "luganda": "Okufuna amawulire agaakagwawo okwetooloola Kampala oyina okusoma empapula z'amawulire." }, { "english": "The police are looking into kidnapping reports that are happening around Kampala.", "luganda": "Poliisi etunula mu alipoota z'okuwamba bantu okwetooloola Kampala" }, { "english": "The border was closed due to misunderstandings between the two countries.", "luganda": "Ensalo yaggalwa olw'obutategeeragana wakati w'amawanga gombi." }, { "english": "The government wants to reduce congestion in the city centre.", "luganda": "Gavumenti eyagala kukendeeza ku mujjuzo kibuga wakati." }, { "english": "Most people do not go for medical checkups not until its late.", "luganda": "Abantu abasinga tebagenda kukeberebwa okutuusa nga obudde buyise." }, { "english": "They use a new vehicle for kidnapping.", "luganda": "Bakozesa emmotoka mpya okuwamba abantu." }, { "english": "Serving in the supreme court requires a lot of experience.", "luganda": "Okuweereza mu kkooti ensukkulumu kyetaagisa obumanyirivu bungi." }, { "english": "Best teachers to be announced this week.", "luganda": "Abasomesa abasinze baakulangirirwa wiiki eno." }, { "english": "Top taxpayers in the country have been named.", "luganda": "Abasinga okuwa omusolo mu ggwanga banokoddwayo." }, { "english": "Police have been investigating this murder for some time.", "luganda": "Poliisi ebadde enoonyereza ku musango gw'obutemu guno okumala ebbanga." }, { "english": "The city authority has made it a priority to install street lights.", "luganda": "Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga kikulembezza okuteekawo ebitaala by'oku nguudo." }, { "english": "Money given to people by politicians should instead be used to improve community services.", "luganda": "Ensimbi eziweebbwa abantu okuva mu bannabyabufuzi zandibadde zeeyambisibwa okutumbula obuweereza mu kitundu." }, { "english": "Student loans are available now.", "luganda": "Ssente z'abayizi ezeewolebwa weeziri kati." }, { "english": "Due to poor ruling the magistrate was shot and this caused panic.", "luganda": "Olw'ensala embi omulamuzi yakubiddwa essasi era kino kyaleeseewo akasattiro." }, { "english": "The suspects have been granted bail", "luganda": "Abateeberezebwa bateereddwa ku kakalu ka kkooti." }, { "english": "A new drug is expected to be on market soon.", "luganda": "Eddagala eppya lisuubirwa okuba ku katale mu kaseera akatali ka wala." }, { "english": "You should consider using grass for your home compound.", "luganda": "Oteekeddwa okulowooza ku kukozesa omuddo mu luggya lw'amaka go." }, { "english": "The rise of African leaders to power.", "luganda": "Okujja kw'abakulembeze ba africa mu buyinza." }, { "english": "This new drug really works well.", "luganda": "Eddagala eppya mu butuufu likola bulungi." }, { "english": "The court is questioning the council over its recent actions.", "luganda": "Kkooti ebuuza akakiiko ku bikolwa byako ebiyise." }, { "english": "Why young people engage in corruption?", "luganda": "Lwaki abantu abato beenyigira mu kulya enguzi?" }, { "english": "People no longer mind about others but prioritise selfish interests.", "luganda": "Abantu tebakyafaayo ku balala wabula bakulembeza bibagasa nga bbo." }, { "english": "Trade between these countries is being promoted by their leaders.", "luganda": "Obusuubuzi wakati w'amawanga gano butumbulwa bakulembeze baago." }, { "english": "Leaders encourage youths to start small businesses.", "luganda": "Abakulembeze bakubiriza abavubuka okutandikawo bu bizinensi obutonotono." }, { "english": "This place is associated with a lot of murder.", "luganda": "Ekifo kirimu nnyo ettemu." }, { "english": "Students can do a masters in any course of their choice.", "luganda": "Abayizi basobola okusoma ddiguli eyookubiri mu kkoosi yonna gye beeyagalidde." }, { "english": "Leaders are bringing change in their districts.", "luganda": "Abakulembeze baleeta enkyukakyuka mu disitulikiti zaabwe." }, { "english": "The army is patrolling every night.", "luganda": "Amagye galawuna buli kiro." }, { "english": "Mobile money agents are involved in recent crimes.", "luganda": "Bakitunzi ba mobile money babadde nnyo mu misango gye buvuddeko." }, { "english": "What is the security situation in your area?", "luganda": "Embeera y'ebyokwerinda eri etya mu kitundu kyammwe?" }, { "english": "Farmers are expected to get high profits from their sales.", "luganda": "Abalimi basuubirwa okufuna amagoba mangi mu bye batunda." }, { "english": "Murder suspects are to appear before the court today.", "luganda": "Abateeberezebwa ogw'obutemu baakulabikako mu kkooti leero." }, { "english": "Leaders are setting up programs to help their communities.", "luganda": "Abakulembeze bassaawo zi pulogulaamu okuyamba ebitundu byabwe." }, { "english": "Be updated with the latest news.", "luganda": "Beera ng'omanyi amawulire agaakagwawo." }, { "english": "Whose properties are those?", "luganda": "Ebyo ebintu by'ani?" }, { "english": "Is it normal for businessmen to get loans from the bank?", "luganda": "Kya bulijjo abasuubuuzi okwewola mu bbanka?" }, { "english": "Reckless driving leads to many accidents.", "luganda": "Okuvugisa ekimama kuviirako obubenje bungi." }, { "english": "Pupils in rural areas are studying under trees.", "luganda": "Abayizi mu byalo basomera wansi wa miti." }, { "english": "Legal experts interpret the laws to the public.", "luganda": "Bannamateeka abakugu bataputira abantu amateeka." }, { "english": "Schools are expected to open next month.", "luganda": "Amasomero gasuubirwa okuggulawo omwezi ogujja." }, { "english": "Who are the most famous murderers?", "luganda": "Batemu ki abakyasinze okumanyika?" }, { "english": "People do not know what they want.", "luganda": "Abantu tebamanyi kye baagala." }, { "english": "Interest rates have been lowered for the people.", "luganda": "Abantu bakendeerezeddwa ku magoba." }, { "english": "Uganda is producing more electricity than ever.", "luganda": "Uganda efulumya amasannyalaze mangi ekitabangawo." }, { "english": "Marriages are intended for grown-ups.", "luganda": "Obufumbo bw'abo abakuze." }, { "english": "Players have to sign contracts with their clubs", "luganda": "Abazannyi balina okussa emikono ku ndagaano ne ttiimu zaabwe." }, { "english": "The World Health Organisation has released a report about children.", "luganda": "Ekitongele ky'ensi yonna eky'ebyobulamu kiwadde alipoota ku baana." }, { "english": "A businessman has given some of the properties to his son.", "luganda": "Omusuubuzi awadde mutabani we ebimu ku bintu bye." }, { "english": "Receive free Hepatitis vaccine at Kololo.", "luganda": "Funa eddagala ly'okugema obulwadde bw'ekibumba e Kololo." }, { "english": "A speech on the status of the Health Sector.", "luganda": "Okwogera ku ngeri ekitongole ky'ebyobulamu gye kiyimiriddemu." }, { "english": "The status of the health sector will be discussed live on television.", "luganda": "Engeri ekitongole ky'ebyobulamu gye kiyimiriddemu ejja kunyonnyolwa ku terefayina." }, { "english": "A doctor will give an insight into the health sector on television.", "luganda": "Omusawo ajja kunyonnyola ebifa ku byobulamu ku terefayina." }, { "english": "Specialist clinicians have been advised to train interns.", "luganda": "Abakugu mu byobujjanjabi baweereddwa amagezi okutendeka abayizi abali mu kwegezaamu." }, { "english": "A Ugandan has won the prestigious news award.", "luganda": "Munnayuganda awangudde ekirabo ky'amawulire eky'ekitiibwa." }, { "english": "Uganda is conducting a nationwide Measles-Rubella Campaign.", "luganda": "Uganda eri mu kaweefube ku w'okugema olunkusense-Kikutiya." }, { "english": "A new medical kit has been launched in Uganda", "luganda": "Akasanduuko k'ekisawo akapya katongozeddwa mu Uganda" }, { "english": "Supervisors are being trained for the Measles-Rubella campaign", "luganda": "Abalondoozi bali mu kutendekebwa olwa kaweefube w'okugema olukusense-Kikutiya." }, { "english": "Severe birth defects can arise from pregnant women getting Rubella", "luganda": "Obuzibu obw'amaanyi mu kuzaala busobola okweyongera singa omukyala w'olubuto afuna obulwadde bwa Kikutiya" }, { "english": "A campaign to end Malaria", "luganda": "Kaweefube w'okukomya omusujja gw'ensiri" }, { "english": "Let us congratulate Ugandans representing the country at the start of the Independence week.", "luganda": "Ka tuyozeeyoze bannayuganda abakiikirira eggwanga ku ntandikwa ya wiiki y'ameefuga." }, { "english": "The Measles-Rubella vaccine is administered by injection", "luganda": "Eddagala erigema Olukusense-Kikutiya liyisibwa mu mpiso." }, { "english": "The ministry has warned malicious individuals against creating misleading posts on immunization.", "luganda": "Minisitule erabudde abantu abeenoonyeza ebyabwe ku kufulumya obubaka obuwabya abantu ku kugema." }, { "english": "There are no fees charged for individuals planning to work for the government.", "luganda": "Tewali ssente zonna zisabibwa bantu abeetekateeka okukolera gavumenti." }, { "english": "Celebrating Uganda's Independence", "luganda": "Okujaguza ameefuga ga Uganda" }, { "english": "Uganda has contributed money to help fight three major health epidemics", "luganda": "Uganda ewaddeyo ssente okusobola okuyambako mu kulwanyisa ebirwadde ebisatu binnamutta." }, { "english": "Enough time will be given to people in a private space to help prevent suicide.", "luganda": "Obudde obuwera bujja kuweebwa abantu mu kisenge eky'ekyama okusobola okwewala okwetta." }, { "english": "Parents are advised to take children for immunization.", "luganda": "Abazadde bakubirizibwa okutwala abaana okugemebwa." }, { "english": "The campaign will take place in the four days of October for a district in Uganda.", "luganda": "Kaweefube ajja kutwala ennaku nnya mu gwekkumi mu buli disitulikiti mu Uganda." }, { "english": "Conclusion of the first day of the Measles-Rubella and Polio immunization campaign.", "luganda": "Okuwumbawumba kw'olunaku olusooka ku kaweefube w'okugema Olukusense-Kikutiya ne Ppooliyo." }, { "english": "Parents are against the Measles and Polio Campaign", "luganda": "Abazadde bawakanyizza kaweefube w'okulwanyisa olukusense ne ppooliyo." }, { "english": "A minister's child has been immunised against Measles-Rubella", "luganda": "Omwana wa minisita agemeddwa obulwadde bw'olukusense-Kikutiya" }, { "english": "Children in schools have been vaccinated against Measles-Rubella and Polio", "luganda": "Abaana mu masomero bagemeddwa obulwadde bw'Olukusense-Kikutiya ne ppooliyo" }, { "english": "Discussion on what Rubella is and how it can be transmitted", "luganda": "Okukubaganya ebirowoozo ku bulwadde bwa Kikutiya kye ki n'engeri gye busaasaanamu" }, { "english": "Congratulations to the health workers", "luganda": "Tuyozaayoza abasawo" }, { "english": "Measles vaccines should be provided without fail.", "luganda": "Eddagala erigema Olunkusense lirina okugabibwa." }, { "english": "Extension of the Measles-Rubella immunization campaign.", "luganda": "Okwongezaayo kwa kampeyini y'okugema obulwadde bw'Olukusense-Kikutiya." }, { "english": "Cross border collaboration is to be discussed on Ebola virus disease.", "luganda": "Enkolagana busukkansalo yaakuteesebwako ku kawuka akaleeta ekirwadde kya Ebola." }, { "english": "All children under fifteen years are supposed to receive Measles and Polio vaccines", "luganda": "Abaana bonna abali wansi w'emyaka kkumi n'etaano balina okugemebwa Ppoliyo n'Olukusense." }, { "english": "Parliament should put health issues first above anything else.", "luganda": "Paalamenti erina okuteeka ebyobulamu ku mwanjo okusinga ebintu ebirala byonna." }, { "english": "Polio is quite common in children under the age of five.", "luganda": "Ppooliyo ali nnyo mu baana abakka wansi w'emyaka etaano." }, { "english": "School children should be vaccinated against Polio and Measles.", "luganda": "Abaana b'essomero balina okugemebwa Ppooliyo n'Olukusense." }, { "english": "I am grateful for the ongoing support from the ministry of health to Ugandans.", "luganda": "Nsiima obuwagizi bw'ekitongole ky'ebyobulamu eri bannayuganda." }, { "english": "Accident and emergency units are being equipped.", "luganda": "Ebifo awajjanjabirwa ab'obubenje n'abali mu mbeera embi biwereddwa ebyetaagisa." }, { "english": "It's two days to the 1st National Health Promotion and Disease Conference.", "luganda": "Ebula ennaku bbiri okutuuka ku lukungaana lw'eggwanga olusooka ku kutumbula ebikwata ku bulamu n'endwadde." }, { "english": "There is a need for innovation around testing kits for various diseases.", "luganda": "Waliwo obwetaavu bw'okutondawo ebikozesebwa okukebera endwadde ez'enjawulo." }, { "english": "Support from the technical and financial team is appreciated by the Ministry of Health.", "luganda": "Obuwagizi okuva mu bakugu n'abakola mu byensimbi busiimibwa ekitongole ky'ebyobulamu." }, { "english": "A quick emergency response demonstration will be conducted at Kololo Independence Grounds.", "luganda": "Okwolesa obudduukirize obw'amangu obujja okukolebwa ku kisaawe ky'ameenunula e Kololo." }, { "english": "Pneumonia can be caused by viruses bacteria and fungi.", "luganda": "Lubyamira aleetebwa obuwuka obw'enjawulo." }, { "english": "The Medical implementation plan has been launched.", "luganda": "Enteekateeka z'obujjanjabi zitongozeddwa." }, { "english": "A tool kit to improve the quality of Tuberculosis care has been launched.", "luganda": "Akabookisi k'ebikozesebwa okutumbula ku mutindo gw'endabirira y'abalina akafuba katongozeddwa." }, { "english": "Recently land grabbing has become very common in society.", "luganda": "Gye buvuddeko ekibbattaka kibadde kingi mu kitundu." }, { "english": "The tour was concluded by the honourable minister.", "luganda": "Okulambula kwafundikirwa minisita." }, { "english": "The project is focusing on suppliers in different parts of the country.", "luganda": "Pulojekiti essira eritadde ku bakitunzi mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo." }, { "english": "There is an increase in the production of foods rich in vitamins.", "luganda": "Waliwo okweyongera mu kufulumya emmere erimu vvitamiini." }, { "english": "There will be a two-day discussion about the pest outbreak.", "luganda": "Wajja kubaawo okukubaganya ebirowoozo kwa nnaku bbiri ku kubalukawo kw'ebiwuka ." }, { "english": "Various issues were addressed by the speaker during the meeting.", "luganda": "Ensonga ez'enjawulo zaayanjulwa omukubiriza w'olukiiko." }, { "english": "This is the only way of reaching out to farmers in those areas.", "luganda": "Eno y'engeri yokka ey'okutuuka ku balimi mu bitundu ebyo." }, { "english": "Different means of communication are used to educate farmers about pest outbreaks.", "luganda": "Empuliziganya ez'enjawulo zikozeseddwa okusomesa abalimi ku kubalukawo kw'ebiwuka." }, { "english": "There is an outbreak of maize destroying pest in that district.", "luganda": "Waliwo okubalukawo kw'ekiwuka ekyonoona kasooli mu disitulikiti eyo." }, { "english": "Fake insecticides are flooding the market these days.", "luganda": "Eddagala ly'ebiwuka lingi ku katale ennaku zino." }, { "english": "Experts are searching for the best ways of stopping the spread of the disease.", "luganda": "Abakugu banoonya engeri ezisinga obulungi ez'okukomya okusaasaana kw'endwadde." }, { "english": "Diseases in animals can also be controlled by vaccination.", "luganda": "Endwadde mu nsolo zisobola n'okuziyizibwa nga tugema." }, { "english": "Rural farmers have not adopted irrigation during dry seasons.", "luganda": "Abalimi b'omu byalo tebettanidde kufukirira mu biseera by'ekyeya." }, { "english": "Watering supports crops to grow during the dry season.", "luganda": "Okufukirira kuyamba ebimera okukula mu biseera by'ekyeya." }, { "english": "There is no electricity in my home area.", "luganda": "Teri masannyalaze mu kitundu gye nzaalibwa." }, { "english": "Farm schools have been set up to support the agricultural sector.", "luganda": "Amasomero g'ebyobulimi gagguddwawo okuyambako okutumbula ebyobulimi." }, { "english": "Water tank dealers are enjoying the market across the country.", "luganda": "Abatunda ttanka z'amazzi beeyagalira mu katale mu ggwanga wonna." }, { "english": "Government has constructed boreholes to reduce the water problem.", "luganda": "Gavumenti ataddeewo zi nnayikondo okukendeeza ekizibu ky'amazzi." }, { "english": "The organization has given us disease-resistant cassava stems.", "luganda": "Ekitingole kituwadde emiti gya muwogo egitalumbibwa ndwadde." }, { "english": "Not every pesticide should be used to spray ticks.", "luganda": "Si buli ddagala nti lirina okukozesebwa okufuuyira enkwa." }, { "english": "All farmers should spray their cattle to fight off ticks.", "luganda": "Abalunzi bonna balina okufuuyira ente zaabwe okusobola okulwanyisa enkwa." }, { "english": "Health officers warn meat sellers about the poor hygiene of butcheries.", "luganda": "Ab'ebyobulamu balabudde abatunzi b'ennyama ku bukyafu mu zi bbucca." }, { "english": "Veterinary officers have supported animal keepers across the nation.", "luganda": "Abasawo b'ebisolo bayambye abalunzi okwetooloola eggwanga lyonna." }, { "english": "Many people in rural areas grow food for home consumption.", "luganda": "Abantu bangi mu byalo balima mmere ya kulya waka." }, { "english": "They have engaged farmers to help them learn when to carry out spraying.", "luganda": "Beetabizzaamu abalimi okubayamba okuyiga ddi lwe balina okufuuyira." }, { "english": "Coffee is one of the major cash crops in Uganda.", "luganda": "Emmwanyi kimu ku birime eby'okutunda ebisinga mu Uganda." }, { "english": "District governments need to agree on what's best for their communities", "luganda": "Gavumenti z'ebitundu zirina okukkaanya ku kisinga obulungi eri ebitundu byazo" }, { "english": "Civil servants often ask for salary increments", "luganda": "Abakozi ba gavumenti batera okusaba okubongeza emisaala" }, { "english": "Salary increments often spark off a debate among members of the public", "luganda": "Okwongeza emisaala kutera okukubaganyizibwako ebirowoozo mu bantu" }, { "english": "Lecturers have put down their tools until their salary is increased.", "luganda": "Basaabasomesa beediimye okutuusa ng'omusaala gwabwe gwongezeddwa." }, { "english": "The government should increase the salary of local councillors", "luganda": "Gavumenti erina okwongeza e misaala gy'abakansala b'ebitundu." }, { "english": "Lack of consensus among council members affects the members of the community", "luganda": "Obutakkaanya mu bakiise ku lukiiko bukosa abatuuze b'ekitundu" }, { "english": "Councillors need to agree on social policy for their communities", "luganda": "Bakansala beetaaga okukkaanya ku mateeka agafuga abantu mu bitundu" }, { "english": "District councillors are poorly paid which affects service delivery", "luganda": "Bakansala ba disitulikiti basasulwa bubi ekikosa empeereza" }, { "english": "The government should increase the money allocated for district budgets", "luganda": "Gavumenti erina okwongera ku ssente eziweebwa mu mbalirira ya disitulikiti" }, { "english": "Women are not equally represented in leadership positions", "luganda": "Abakyala tebakiikiriddwa bulungi mu bifo by'obukulembeze" }, { "english": "Allowances of District councillors should be raised to improve service delivery", "luganda": "Ensako ya bakansala ba disitulikiti erina okubaweebwa okusobola okutumbula obuweereza." }, { "english": "Councillors are looked at as low-income civil servants", "luganda": "Bakansala batunuulirwa ng'abakozi ba gavumenti bamufunampola" }, { "english": "District officials should pass economic policies that are beneficial to their communities", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti balina okuyisa amateeka g'ebyensimbi agaganyula ebitundu byabwe." }, { "english": "There are reports of high rates of corruption in district governments", "luganda": "Waliwo alipoota ku buli bw'enguzi obungi mu gavumenti z'ebitundu" }, { "english": "Road safety campaigns are aimed at reducing road accidents", "luganda": "Kaweefube w'enkozesa y'enguudo ennungi agendereddwamu kukendeeza ku bubenje ku makubo" }, { "english": "Road signs and symbols also help in reducing road accidents", "luganda": "Obubonero bw'oku nguudo nabwo buyamba mu kukendeeza obubenje bw'oku nguudo." }, { "english": "The high number of accidents are a result of bad driving", "luganda": "Obubenje obungi buva ku kuvuga bubi" }, { "english": "Zebra crossings are helpful to primary pupils for safe road crossing", "luganda": "Ebifo ab'ebigere we basalira biyamba nnyo abayizi ba pulayimale okusala obulungi oluguudo." }, { "english": "Always have a driving permit whenever you're driving", "luganda": "Beera ne ppamiti yo ekukkiriza okuvuga buli lw'oba ovuga" }, { "english": "Bodaboda operators can be helpful in road safety campaigns since they are mobile", "luganda": "Abavuzi ba booda booda basobola akuba ab'omugaso mu kaweefube w'enkozesa y'enguudo ennungi kubanga batuuka buli wamu." }, { "english": "Pedestrians should be sensitized on road safety guidelines to reduce accidents", "luganda": "Abakozesa ebigere ku nguudo balina okutegeezebwa ku mateeka g'enkozesa y'oluguuddo okusobola okukendeeza ku bubenje" }, { "english": "Bodaboda riders through their association can get loans for capital", "luganda": "Abavuzi ba booda booda okuyita mu bibiina byabwe basobola okufuna looni z'entandikwa." }, { "english": "Zebra crossings should regularly be painted after a while to better visibility", "luganda": "Ebifo ab'ebigere we basalira birina okusiigibwa buli luvannyuma lw'ekiseera okulabibwa obulungi." }, { "english": "Bodaboda riders should work closely with traffic authorities to reduce road accidents", "luganda": "Abavuzi ba booda booda balina okukolera awamu n'abaserikale b'oku nguuddo okukendeeza obubenje ku nguudo." }, { "english": "More road safety sensitization is a need in rural areas as it's done in urban communities", "luganda": "Okumanyisibwa mu nkozesa y'enduudo ennungi kwetaagibwa mu byalo nga bwe kikolebwa mu bitundu by'ekibuga" }, { "english": "Private bodaboda owners should also adhere to the road safety guidelines", "luganda": "Bannannyini booda booda ez'obwannanyini balina okugoberera amateeka agafuga enkozesa y'enguudo." }, { "english": "Road safety drives can also include community cleaning activities and sanitation awareness", "luganda": "Enkozesa y'enguudo ennungi esobola okuzingiramu emirimu gy'okuyonja n'okubunyisa amawulire ku buyonjo." }, { "english": "We should buy locally made products to help build our local economy", "luganda": "Tulina okugula ebintu ebikolebwa wano okuyamba okuzimba ebyenfuna by'eggwanga." }, { "english": "Construction of the state of the art stadiums will help boost sports activities", "luganda": "Okuzimba ebisaawe ggaggadde kijja kutumbula ebyemizannyo." }, { "english": "Children in refugee camps should get an education like normal citizens", "luganda": "Abaana mu nkambi z'abanoonyiboobubudamu balina okutuusibwako ebyenjigiriza nga bannansi" }, { "english": "The government should award contracts to local manufacturers to create more local jobs", "luganda": "Gavumenti erina okuwa endagaano eri bannamakolero wano okusobola okutondawo emirimu mu nsi emirala" }, { "english": "The good road network makes the delivery of support to refugees easier", "luganda": "Amakubo amalungi gasobozesa okutuusa obuyambi eri abanoonyiboobubudamu okwangu." }, { "english": "Many refugees suffer from malnutrition due to lack of a balanced diet", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu bangi bakosebwa endya embi olw'ebbula ly'emmere erimu ebiriisa." }, { "english": "Self-diagnosis kits help in early disease detection in rural communities", "luganda": "Ebikozesebwa mu kwekebera enddwadde biyamba mu kukenga amangu enddwadde mu byalo." }, { "english": "The war in South Sudan has led to a refugee influx in Uganda", "luganda": "Olutalo mu South Sudani luleetedde abanyoonyiboobubudamu abangi okuyingira mu Uganda." }, { "english": "International Organizations often come out to donate food to refugees", "luganda": "Ebitongole by'ensi yonna bitera okuvaayo ne biwa emmere abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "The government should follow up on education for children refugees", "luganda": "Gavumenti erina okulondoola ensoma y'abaana abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "Refugee children should be trained in carpentry and welding to earn a living", "luganda": "Abaana abanoonyiboobubudamu bayina okuteendekebwa mu kubajja n'okwokya ebyuma okusobola okufuna ssente." }, { "english": "Schools should adopt online learning during this pandemic", "luganda": "Amasomero gayina okwettanira okusomeseza ku mitimbagano mu biseera by'ekirwadde bbunansi kino." }, { "english": "Refugee children also deserve an education so they can take care of their families", "luganda": "Abaana abanoonyiboobubudamu nabo basaana okusomesebwa basobole okulabirira amaka gaabwe." }, { "english": "The government should allocate more money to refugee budgets", "luganda": "Gavumenti erina okwongera ku ssente z'eteeka ku mbaririra y'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "Vocational skills are an important form of education for refugees", "luganda": "Okuyiga eby'emikono nsoma nnungi eri abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "Money allocated for disaster relief should not be swindled as this affects the country", "luganda": "Ensimbi eziteekebwa ku bibamba tezirina kubbibwa kubanga kino kikosa eggwanga." }, { "english": "Quality assurance inspections ensure students are getting the best education services", "luganda": "Okulondoola omutindo kigenderera okulaba nti abayizi bafuna okusoma okusingayo." }, { "english": "Early child marriages have resulted in many girls dropping out of school", "luganda": "Okufumbirwa amangu mu baana kireetedde abawala bangi okuva mu masomero." }, { "english": "Teacher accommodation facilitation ensures teachers never run late for classes", "luganda": "Ebisulo by'abasomesa biyamba abasomesa tebatuuka kikeerezi mu bibiina" }, { "english": "We all need to welcome refugees in our country.", "luganda": "Ffenna twetaaga okwaniriza abanoonyiboobubudamu mu nsi yaffe." }, { "english": "Refugee agricultural projects ensure that these communities can now feed themselves", "luganda": "Polojekiti z'abanoonyiboobubudamu ez'ebyobulimi zigenderera okulaba nga ebitundu bino kati bisobola okwerabirira." }, { "english": "Refugee communities should engage with host communities to build social relationships", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu bayina okukwatagaana n'ababasenzezza okusobola okuzimba ekolagana." }, { "english": "Doctors need to sleep in staff houses to have immediate access to patients", "luganda": "Abasawo beetaaga basule mu nnyumba z'abakozi okusobola okukola amangu ku balwadde." }, { "english": "The health sector is staff deficient creating a large doctor to patient ratio", "luganda": "Ekitongole ky'ebyobulamu tekirina bakozi bamala ekireetera omusawo omu okukola ku balwadde abangi." }, { "english": "Doctors need free accommodation as an incentive", "luganda": "Abasawo beetaaga ebisulo eby'obwereere nga ekibasikiriza." }, { "english": "Surgeons are very rare in hospitals hence creating a huge demand", "luganda": "Abasawo abalongoosa batono nnyo mu malwaliro ekireetera obwetaavu bwabwe okubeera waggulu." }, { "english": "Regular inspection of newly constructed roads is needed for quality assurance", "luganda": "Okulondoola entakera enguudo empya ezizimbiddwa kwetaagibwa okusobola okukuuma omutindo." }, { "english": "The government should reduce borrowing and use local revenue", "luganda": "Gavumenti eyina okukeendeeza ku kwewola ekozese ku ssente z'ejja mu misolo gya kuno." }, { "english": "The general public has distrust in law enforcement institutes", "luganda": "Abatuuze tebalina bwesige mu bitongole ebikwasisa amateeka." }, { "english": "Poaching harms the tourism industry as species keep reducing", "luganda": "Okuyigga ebisolo by'oku ttale kikosa ebyobulambuuzi kubanga ebika by'ebisolo bikeendera." }, { "english": "Mob violence should strongly be condemned as an innocent life may be lost", "luganda": "Okutwalira amateeka mu ngalo kirina okuvumirirwa ennyo kubanaga abantu abatalina musango bayinza okufiirwa obulamu." }, { "english": "Business people are often assassinated due to business wrangles", "luganda": "Abasuubuzi batera okuttibwa n'amasasi olw'enkaayana mu bizinensi." }, { "english": "Being a Ugandan businessman attracts enemies", "luganda": "Okubeera omusuubuzi omunnayuganda kikuleetera abalabe." }, { "english": "Hotels should step up their security to protect their guests", "luganda": "Wooteli ziyina okunyweza obukuumi bwazo okukuuma abagenyi." }, { "english": "Assassins in Uganda obtain guns illegally and use Bodabodas", "luganda": "Abatta n'emmundu mu Uganda bafuna emmundu mu bumenyi bw'amateeka era bakoseza booda booda." }, { "english": "Mob violence has resulted in the deaths of innocent people", "luganda": "Okutwalira amateeka mu ngalo kiviiriddemu abantu abatalina musango kufa." }, { "english": "The law states that someone is innocent until proven guilty", "luganda": "Etteeka ligamba nti omuntu taba na musango okutuuka nga asingisiddwa." }, { "english": "Gangs often obtain guns illegally from security guards", "luganda": "Ebibinja by'ababbi bifuna emmundu mu bumenyi bw'amateeka okuva ku bakuumaddembe." }, { "english": "Some guns obtained illegally come from cattle rustlers in Karamoja region", "luganda": "Emmundu ezimu ezaafunibwa mu bumebyi bw'amateeka zaava ku banyazi b'ente mu kitundu ky'e Karamoja" }, { "english": "Community policing is important in reducing crime", "luganda": "Okulawuna ebitundu kya mugaso okukendeeza ku buzzi bw'emisango." }, { "english": "People shouldn't engage in mob violence but call the police to take charge", "luganda": "Abantu tebayina kwenyigira mu kutwalira mateeka mu ngalo naye bayite poliisi ekikoleko." }, { "english": "Always move with your National Identity card for easy identification", "luganda": "Bulijjo tambulanga n'endagamuntu yo okumanyibwa amangu." }, { "english": "Police investigations usually take long hence leaving us with no answers", "luganda": "Okunoonyereza kwa poliisi kutera okulwawo ne tusigala nga tetulina kyakuddamu." }, { "english": "Land wrangles have often resulted in deaths and evictions", "luganda": "Enkaayana ku ttaka zizze zifiiramu abantu n'okusengulwa." }, { "english": "Tribalism can often lead to war if it is not brought under control", "luganda": "Okusosola mu mawanga kusobola okuvaamu entalo singa tekukomezebwa." }, { "english": "Authorities should solve land wrangles to prevent violence", "luganda": "Aboobuyinza balina okugonjoola enkaayana ku ttaka okumalawo obutabanguko." }, { "english": "A land title helps one prove that they own the land they have", "luganda": "Ekyapa ky'ettaka kiyamba okukakasa nti be bannannyini ttaka lye balina." }, { "english": "Clear boundaries should be demarcated to prevent land encroachment", "luganda": "Ensalo ennungi zirina okuteekebwawo okutangira okwesenza ku ttaka." }, { "english": "Cultural leaders should sensitize their communities to take part in commercial Agriculture", "luganda": "Abakulembeeze b'ennono balina okusomesa abantu baabwe okwenyigira mu bulimi obuvaamu ensimbi." }, { "english": "People need to be sensitized on land rights to avoid land violence", "luganda": "Abantu bayina okumanyisibwa ku mateeka g'ettaka okutangira obutabanguko ku ttaka." }, { "english": "Cultural leaders should preach peace and harmony in their communities", "luganda": "Abakulembeze b'ennono balina okukubiriza emirembe n'obumu mu bitundu byabwe." }, { "english": "Land wrangles result in division among family members", "luganda": "Enkaayana z'ettaka zivaamu enjawukana mu bantu ba famire." }, { "english": "Cultural leaders shouldn't promote division in their communities", "luganda": "Abakulembeeze b'ennono tebalina kuleetawo njawukana mu bitundu." }, { "english": "The Ugandan judiciary has been accused of massive corruption", "luganda": "Essiga lya Uganda eddamuzi ligambibwa okubaamu nnyo enguzi." }, { "english": "Cultural leaders need to come to a consensus to prevent tribal wars", "luganda": "Abakulembeze b'ennono balina okutuuka ku nzikiriziganya okutangira entalo z'amawanga." }, { "english": "Tribal disputes should be solved with dialogue instead of violence", "luganda": "Obutakwaatagana mu mawanga buyina kumalibwawo na kuteesagana mu kifo ky'obutabanguko." }, { "english": "There is mismanagement of funds in district financial committees", "luganda": "Waliwo enkwata y'ensimbi embi mu kakiiko ka disitulikiti ak'ebyensimbi." }, { "english": "Many local council officials have been sighted as being involved in corruption scandals", "luganda": "Abakulembeze ba gavumenti z'ebitundu bangi balabiddwa mu kwenyigira mu buli bw'enguzi" }, { "english": "The government should tighten its grip on corruption in districts", "luganda": "Gavumenti erina okunyweza ku ngeri gy'ekwatamu enguzi mu zi disitulikiti." }, { "english": "Regular audits should be done at the district level to curb corruption", "luganda": "Okubalirirwa okwa buli kaseera kulina okukolebwa ku disitulikiti okusobola okumalawo enguzi." }, { "english": "Local council members found guilty of corruption should serve jail time", "luganda": "Bammemba b'akakiiko abasangibwa nga balya enguzi balina okusibibwa." }, { "english": "Sports funds are often mismanaged hence affecting the sector", "luganda": "Ensimbi z'ebyemizannyo zitera okukwatibwa obubi ekireetera okukosa ebyemizannyo" }, { "english": "There are allegations of fraud in the district procurement department", "luganda": "Waliwo obufere obugambibwa obuli mu kitongole kya disitulikiti ekiguzi ky'ebintu." }, { "english": "Local revenue should be tracked and monitored to fight embezzlement of funds", "luganda": "Emisolo egikungaanyizibwa kuno girina okulondoolwa okulwanisa okukozesa obubbi bw'ensimbi" }, { "english": "Top district officials need to provide financial accountability to their communities", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti ab'oku ntiko beetaaga okuwa ensaansaanya y'ensimbi eri ebitundu byabwe" }, { "english": "District funds can be diverted to economic projects aimed at poverty eradication", "luganda": "Ensimbi za disitulikiti zisobola okuteekebwa ku pulojekiti z'ebyenfuna ezigenderera okumalawo obwavu." }, { "english": "Assets of corrupt officials should be frozen when proven guilty", "luganda": "Ebyobugagga by'abakungu abali b'enguzi bisaana kuteekebwako envumbo singa omusango kubakka mu vvi" }, { "english": "Some government officials are falsely accused of corruption hence tarnishing their image", "luganda": "Abakungu ba gavumenti abamu balumirizibwa mu bukyamu okulya enguzi ekittatana ekifaananyi kyabwe." }, { "english": "Lack of evidence is common in corruption cases since corrupt officials cover their tracks", "luganda": "Ebbula ly'obujulizi lingi mu misango gy'obuli bw'enguzi olw'okuba abakungu abalya enguzi bakweka ebibakwatako." }, { "english": "Most corruption cases get thrown out of court due to lack of evidence", "luganda": "Emisango gy'obuli bw'enguzi egisinga gigobebwa mu mbuga z'amateeka olw'okubulwa obukakafu." }, { "english": "Organizations should use financial technologies in the fight against corruption", "luganda": "Ebitongole birina okukozesa tekinologiya w'ebyensimbi okulwanisa obuli bw'enguzi." }, { "english": "Witch-hunting is common in public office which can result in false allegations", "luganda": "Okunoonya abeeraguze kungi mu woofiisi z'olukale ekiyinza okuviiramu okuwayiriza." }, { "english": "National Forestry Authority is often accused of mismanagement of forests", "luganda": "National Forestry Authority etera okuvaayo ku nkwata y'ebibira embi." }, { "english": "The officials told him what he was supposed to do.", "luganda": "Abakungu baamugamba kye yali ateekeddwa okukola." }, { "english": "The officials did not trust him.", "luganda": "Abakungu tebamwesiga." }, { "english": "There was no enough evidence to convict the suspect.", "luganda": "Tewaaliwo bujulizi bumala kusingisa ateeberezebwa musango." }, { "english": "God is great.", "luganda": "Katonda wa maanyi." }, { "english": "He was popular among the people.", "luganda": "Yabadde mumanyifu mu bantu bonna." }, { "english": "There is massive deforestation in the area.", "luganda": "Waliwo okusaanyawo ennyo ebibira mu kitundu." }, { "english": "People in Adjumani have acquired skills to engage in business.", "luganda": "Abantu mu Adjumani bafunye obukugu okwetaba mu busuubuzi." }, { "english": "The government has provided employment opportunities for the people.", "luganda": "Gavumenti ewadde abantu emirimu." }, { "english": "The district will coordinate all project activities.", "luganda": "Disitulikiti ejja kukwasaganya emirimu gya pulojeketi gyonna." }, { "english": "The officials explained that people only need skills to start up something beneficial.", "luganda": "Abakungu banyonnyodde nti abantu beetaaga obukugu okutandikawo ekintu kyonna ekibagasa." }, { "english": "The project aims at improving the welfare of the youth.", "luganda": "Pulojekiti egenderera okulongoosa embeera y'abavubuka." }, { "english": "Refugees have not engaged in business activities.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu tebeenyigidde mu mirimu gya busuubuzi." }, { "english": "The people are not consistent with their skills in businesses.", "luganda": "Abantu tebalemerako na bukugu bwabwe mu bizinesi" }, { "english": "The project opportunities should be distributed evenly among all people.", "luganda": "Emirimu gya pulojekiti girina okugabanyizibwamu kyenkanyi mu bantu bonna." }, { "english": "Opportunities should be given only to those people who are interested in them.", "luganda": "Emirimu girina kuweebwa abo abantu bokka abagiyinamu obwagazi." }, { "english": "Refugees will also get an opportunity to participate in the project.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu nabo bajja kufuna omukisa okwetaba mu pulojekiti." }, { "english": "People have been arrested for breaking the laws.", "luganda": "Abantu basibiddwa lwa kumenya mateeka." }, { "english": "The army has ensured that the environment is protected and conserved.", "luganda": "Amagye gakakasizza nti obutonde butaasiddwa n'okukuumibwa." }, { "english": "People need to get alternative sources of fuel.", "luganda": "Abantu beetaaga okufuna engeri endala ez'okufunamu amafuta." }, { "english": "The lawbreakers are under police custody.", "luganda": "Abamenyi b'amateeka bali mu mikono gya poliisi." }, { "english": "All people who were encroaching on forests are under arrest.", "luganda": "Abantu bonna abaali beesenza mu bibira bakwatiddwa." }, { "english": "They have been charged against breaking the forest law.", "luganda": "Bavinaaniddwa ogw'okumenya etteeka ly'ekibira." }, { "english": "The suspects will be taken to court for a fair hearing.", "luganda": "Abateeberezebwa bajja kutwalibwa mu mbuga z'amateeka okuwulirwa obulungi." }, { "english": "The police confiscated the machinery used in cutting trees.", "luganda": "Poliisi ewambye ebintu ebyeyambisibwa mu kutema emiti." }, { "english": "The government issued guidelines on how forestry activities should be carried out.", "luganda": "Gavumenti yayisa okulambikibwa ku ngeri emirimu gy'ekibira gye girina okukolebwamu." }, { "english": "The government has taken the initiative to protect the different tree species.", "luganda": "Gavumenti etutte obuvunaanyizibwa okukuuma ebika by'emiti eby'enjawulo." }, { "english": "Adjumani district officials interdicted charcoal trade in a move to protect forests.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti y' Adjumani baakomya okusuubula amanda n'ekigendererwa eky'okukuuma ebibira." }, { "english": "The people of Adjumani need a stable water supply.", "luganda": "Abantu ba Adjumani beetaga okuweebwa amazzi agatavaako." }, { "english": "People take hours to get water for home use.", "luganda": "Abantu batwala essaawa n'essaawa okufuna amazzi ag'okukozesa ewaka." }, { "english": "People need water extension services.", "luganda": "Abantu beetaaga okwongezebwa mu buweereza bw'amazzi." }, { "english": "People are many on water points which limits the quantity they can fetch.", "luganda": "Abantu bangi mu bifo awaggyibwa amazzi ekikendeeza obungi bw'amazzi bwe basobola okufuna." }, { "english": "The district should establish new boreholes in the area.", "luganda": "Disitulikiti erina okuteekawo nnayikondo empya mu kitundu." }, { "english": "The water is not fit for domestic use.", "luganda": "Amazzi si malungi kukozesa waka." }, { "english": "The refugees lack water for domestic use.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu tebalina mazzi ga kukozesa waka." }, { "english": "People especially women compete to get water.", "luganda": "Abantu naddala abakyala bafuba okufuna amazzi." }, { "english": "People use small amounts of water to sustain their lives.", "luganda": "Abantu bakozesa amazzi matono okubeezawo obulamu bwabwe." }, { "english": "The district is planning to establish new sources of water for the people.", "luganda": "Disitulikiti eri mu nteekateeka okuteerawo abantu ebifo empya we baggya amazzi." }, { "english": "The district needs to provide safe and clean water for the people.", "luganda": "Disitulikiti yeetaaga okuwa abantu amazzi amalungi era amayonjo." }, { "english": "The leaders should lobby funds from the Ministry of water to aid the cause.", "luganda": "Abakulembeze balina okusaka ensimbi okuva mu Minisitule y'amazzi okukola ku ensonga." }, { "english": "The district officials are doing everything to control the situation.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti bali mu kukola buli kimu okutaasa embeera." }, { "english": "The district officials have to simplify water accessibility for the people.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti balina okugonza mu engeri abantu gye bafunamu amazzi." }, { "english": "The Prime minister orchestrated the establishment of a new borehole.", "luganda": "Ssaabaminisita yateekateeka okussaawo nnayikondo empya." }, { "english": "The district will relocate refugees to areas with adequate water supply.", "luganda": "Disitulikiti ejja kusengula abanoonyiboobubudamu okubazza mu bifo ebirimu amazzi agamala." }, { "english": "People in Moyo have acquired skills and business knowledge.", "luganda": "Abantu b'e Moyo baafunye obukugu n'amagezi mu byobusuubuzi." }, { "english": "The people will be able to start up and engage in business.", "luganda": "Abantu bajja kuba basobola okutandikawo n'okwenyigira mu busuubuzi." }, { "english": "The skills acquired will enable people to get money.", "luganda": "Obumanyirivu obufuniddwa bujja kuyamba abantu okufuna ensimbi." }, { "english": "People have acquired capital to help them engage in business activities.", "luganda": "Abantu bafunye entandikwa okubayamba okwenyigira mu mirimu gy'obusuubuzi." }, { "english": "People will have job security and the capacity to take care of their families.", "luganda": "Abantu bajja kubeera bakakafu ku mirimu gyabwe n'obusobozi bw'okulabirira abantu baabwe." }, { "english": "People will get the income and improve their standards of living.", "luganda": "Abantu bajja kufuna ensimbi batumbule embeera y'obulamu bwabwe." }, { "english": "The district will continue supporting people's activities to improve their welfare.", "luganda": "Disitulikiti ejja kweyongera okuyamba mirimu gy'abantu okutumbula embeera zaabwe." }, { "english": "The people were sensitized to work hard and manage their businesses well.", "luganda": "Abantu baasomeseddwa okukola ennyo n'okukwata bizinesi zaabwe obulungi." }, { "english": "The districts have poor health care services.", "luganda": "Disitulikiti ziyina ebyobulamu ebibi" }, { "english": "The district officials have to be commended for controlling tuberculosis.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti balina okwebazibwa olw'okutangira obulwadde bw'akafuba." }, { "english": "The officials did a very wonderful job.", "luganda": "Abakungu baakoze omulimu omulungi ennyo." }, { "english": "The district was able to control and eradicate the disease unlike other districts.", "luganda": "Disitulikiti yasobodde okukendeeza n'okumalawo ekirwadde ekitali mu disitulikiti endala." }, { "english": "Adjumani has better and skilled health care practitioners.", "luganda": "Adjumani eyina abasawo abalungi era abakugu." }, { "english": "The districts need skilled and capable health workers to control tuberculosis.", "luganda": "Disitulikiti zeetaaga abasawo abakugu era abasobola okukendeeza ekirwadde ky'akafuba." }, { "english": "Health workers lack protective gears and materials when treating patients.", "luganda": "Abasawo tebalina bya kwekuumisa n'eby'okukozesa nga bajjanjaba abalwadde." }, { "english": "Health workers have limited knowledge about tuberculosis.", "luganda": "Abasawo bayina amagezi matono ku kafuba." }, { "english": "The ministry needs to provide health care services in every community.", "luganda": "Minisitule yeetaaga okuwa obujjanjabi mu buli kitundu." }, { "english": "The district needs to encourage more medical check-ups in the area.", "luganda": "Disitulikiti yeetaaga okwongera okukubiriza okukebera endwadde mu kitundu." }, { "english": "The high influx of refugees is likely to encourage the spread of the disease.", "luganda": "Okweyongera okw'abanoonyiboobubudamu kwandiviirako okusaasaana kw'obulwadde." }, { "english": "People do not trust the coronavirus results from the task force.", "luganda": "Abantu tebeesiga biva mu ku kebera kw'akawuka ka kolona okuva mu kakiiko akadduukirize." }, { "english": "People believe some of the results have been made up by the district.", "luganda": "Abantu bakkiriza nti ebimu ku bifulumizibwa bikolebwa disitulikiti." }, { "english": "Some district officials tested positive to the coronavirus pandemic.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti abamu baasangiddwamu ekirwadde ky'akawuka ka kolona." }, { "english": "The ministry showed its weakness when positive cases tested negative in other areas.", "luganda": "Ekitongole ky'alaze obunafu bwakyo nga abalwadde bakebeddwa mu bitundu ebirala nga tebabulina." }, { "english": "Some people are negative and then they are marked positive.", "luganda": "Abantu abamu si balwadde ne balagibwa nti balwadde." }, { "english": "The elections results from Arua district have lots of questions.", "luganda": "Ebyavudde mu kulonda mu disitulikiti y'a Arua birina ebibuuzo bingi." }, { "english": "The district does not follow up on the positive cases within the district.", "luganda": "Disitulikiti terondoola balwadde abali mu disitulikiti." }, { "english": "People are doubtful of the positive tests released by the district.", "luganda": "Abantu babuusabuusa ku bazuulibwa disitulikiti nga balwdde." }, { "english": "The district does not provide any help to the positive cases at the district.", "luganda": "Disitulikiti tewa balwadde buyambi bwonna ku disitulikiti." }, { "english": "Some of the election results at the district are wrong.", "luganda": "Ebimu ku biva mu kulonda ku disitulikiti bifu." }, { "english": "The district task force should follow established rules and regulations.", "luganda": "Akakiiko ka disitulikiti akadduukirize kalina okugoberera amateeka n'ebiragiro ebyateekebwawo." }, { "english": "Some officials failed to meet the president because of the fake corona results.", "luganda": "Abakungu abamu baalemererwa okusisinkana pulezidenti olw'ebyava mu kukebera kolona ebijingirire." }, { "english": "Some candidates have not been competed against in the general elections.", "luganda": "Abeesimbyewo abamu tebavuganyiziddwa mu kulonda okwawamu." }, { "english": "The family has served in various positions in the army.", "luganda": "Famire weerezza mu bifo eby'enjawulo mu magye." }, { "english": "Her father was a former Idi Amin officer.", "luganda": "Taata we yali ofiisa wa Idi Amin." }, { "english": "The parliamentarian grew up on the Ugandan border.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti yakulira ku nsalo ya Uganda." }, { "english": "Her family came back to Uganda after a regime change in nineteen eighty-six.", "luganda": "Famire ye yakomawo e Uganda oluvannyuma lw'obukulembeze okukyuka mu lukumi lwenda kinaana mu mukaaga." }, { "english": "She studied her primary school at the border area.", "luganda": "Yasomera pulayimale ye ku nsalo." }, { "english": "She was committed to her studies.", "luganda": "Yali afaayo ku kusoma kwe." }, { "english": "She graduated from Makerere University.", "luganda": "Yatikkirwa ku ssettendekero ya Makerere University" }, { "english": "She had a passion for education.", "luganda": "Yalina obwagazi bw'okusoma." }, { "english": "She started equipping people with knowledge at the Uganda Christian University.", "luganda": "Yatandika okuwa abantu amagezi ku ssettendekero ya Uganda Christian University." }, { "english": "She pioneered the existence of a locally-based organisation.", "luganda": "Yakulemberamu okubeerawo kw'ekitongole ekya kuno." }, { "english": "She got a job opportunity in her own field of expertise.", "luganda": "Yafuna omulimu mu kisaawe ky'alinamu obukugu." }, { "english": "She was committed and focused on her duties within the organisation.", "luganda": "Yali yeewaayo era mumalirirvu ku buvunaanyizibwa bwe mu kitongole." }, { "english": "She had the desire of representing the people in her home area.", "luganda": "Yalina obwagazi bw'okukiikirira abantu mu kintu gy'ava." }, { "english": "She entered politics and contested for a political position.", "luganda": "Yayingira ebyobufuzi era n'avuganya ku kifo kyobukulembeze." }, { "english": "She was sworn in as the District woman member of parliament.", "luganda": "Yalayizibwa ng'omubaka omukyala owa disitulikiti." }, { "english": "People thought they would lose if they contested with her.", "luganda": "Abantu baalowooza nti bandiwangulwa singa baavuganya naye." }, { "english": "She became a member of parliament without being opposed.", "luganda": "Yafuuka omubaka wa paalamenti nga tavuganyiziddwa." }, { "english": "She wants her people to have a better way of life.", "luganda": "Ayagala abantu be babeere mu bulamu obulungi." }, { "english": "She understands people's problems more than anyone else.", "luganda": "Ategeera ebizibu by'abantu okusinga n'omuntu omulala yenna." }, { "english": "She knows how to deal with people and various challenges faced by them.", "luganda": "Amanyi engeri y'okukolaganamu n'abantu n'ebibasomooza eby'enjawulo bye basanga." }, { "english": "She aims at emphasizing social transformation by connecting people to different opportunities.", "luganda": "Aluubirira okukkaatiriza enkulaakulana ey'awamu ng'agatta abantu ab'ebitundu eby'enjawulo." }, { "english": "She wants people to have access to their basic needs.", "luganda": "Ayagala abantu bafune ebyetaago byabwe." }, { "english": "The parliamentarian is married and has a family.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti mufumbo era ayina amaka." }, { "english": "The people in the area have participated in agricultural activities.", "luganda": "Abantu mu kitundu beetabye mu mirimu gy'obulimi n'obulunzi." }, { "english": "The farmers get poor quality seed varieties.", "luganda": "Abalimi bafuna ebika by'ensigo ebitatuukanye na mutindo." }, { "english": "Fifty per cent of seeds sold on the Ugandan market are counterfeit.", "luganda": "Ebitundu ataano ku buli kikumi eby'ensigo etundibwa ku katale ka Uganda tebituukanye na mutindo." }, { "english": "Many farmers in the same region bought the fake seeds.", "luganda": "Abalimi bangi mu kitundu kye kimu baagula ensigo embi." }, { "english": "The two-day workshop was organized to train farmers about the fake seeds.", "luganda": "Olukungaana olw'ennaku ebbiri lwateekebwateekebwa okubangula abalimi ku nsigo etatuukanye na mutindo." }, { "english": "Human rights are the freedom that belongs to everyone in the world.", "luganda": "Eddembe ly'obuntu lya buli omu mu nsi." }, { "english": "While in business activities we should respect each other.", "luganda": "Bwe tubeera mu mirimu gy'obusuubuzi tuyina okuwangana ekitiibwa." }, { "english": "We need to collaborate with potential stakeholders.", "luganda": "Twetaaga okukwatagana ne bannannyini migabo abeesobola." }, { "english": "Farmers have a right to participate in decision making.", "luganda": "Abalimi balina eddembe okwetaba mu kukola okusalawo." }, { "english": "Through the training farmers got to know their rights.", "luganda": "Abalimi baamanya eddembe lyabwe okuyita mu kutendekebwa." }, { "english": "Farmers were educated about the fake seeds and their challenges.", "luganda": "Abalimi baasomeseddwa ku nsigo embi n'ebisomooza byazo." }, { "english": "The farmers did not know that they also have their rights.", "luganda": "Abalimi baali tebamanyi nti nabo balina eddembe lyabwe." }, { "english": "They have been informed about where to get good quality seeds.", "luganda": "Bategeezeddwa wa gye balina okuggya ensigo ennungi." }, { "english": "The district leaders taught the farmers their rights and what to follow.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti baasomesa abalimi ku buvanaanyizibwa bwabwe ne bye balina okugoberera." }, { "english": "It increased their ability to achieve their objectives effectively and efficiently.", "luganda": "Kya yongeza ku busobozi bwabwe okutuukiriza ebigendererwa byabwe obulungi ate mu bwangu." }, { "english": "Many groups have come up to teach farmers about the fake seeds on the market.", "luganda": "Ebibinja bingi bizze okusomesa abalimi ku nsigo etatuukanye na mutindo eri ku katale." }, { "english": "Fake seeds affect farm productivity.", "luganda": "Ensigo etatuukaanye na mutindo ekosa ebiva mu kulima." }, { "english": "They sell seeds to farmers that promise high yields but fail to germinate at all.", "luganda": "Baguza abalimi ensigo nga basuubiza okuvaamu amakungula amangi naye egaana okumerera ddala." }, { "english": "Fake seeds lead to low productivity thus keeping farmers in poverty.", "luganda": "Ensigo etatuukaanye na mutindo evaamu amakungula matono ekiviirako okukuumira abalimi mu bwavu." }, { "english": "Village elders urged the farmers not to plant the seeds.", "luganda": "Abakulu ku kyalo baasaba abalimi obutasimba nsigo." }, { "english": "Christians are using the pandemic as an excuse of not tithing.", "luganda": "Abakrisitaayo beekwasa ekirwadde bbunansi obutawaayo kimu kya kkumi." }, { "english": "He is a God of all seasons.", "luganda": "Ye Katonda w'ebiseera byonna." }, { "english": "The president announced the opening of places of worship last week.", "luganda": "Pulezidenti yalangirira okuggulawo amasinzizo wiiki ewedde." }, { "english": "He urged them to spread the word of God in all corners of the country.", "luganda": "Yabakuutira okusaansaanya ekigambo kya Katonda mu buli nsonda y'eggwanga." }, { "english": "The church helped thousands of people to get a sustainable source of water.", "luganda": "Ekkanisa yayamba enkumi n'ekumi z'abantu okufuna ewava amazzi awalungi." }, { "english": "The pastor's wife introduced the sewing project to the youth.", "luganda": "Mukyala w'omusumba yayanjulidde abavubuka pulojekiti y'okutunga." }, { "english": "The pastor's house is under construction.", "luganda": "Enju y'omusumba eri mu kuzimbibwa." }, { "english": "Kenya reopened places of worship under strict conditions.", "luganda": "Kenya yaguddewo amasinzizo wansi w'ebiragiro ebikakali." }, { "english": "The organization is teaching the community about the risks of early pregnancies in girls.", "luganda": "Ekitongole kiri mu kusomesa abantu ku kabi k'okufuna embuto amangu mu bawala." }, { "english": "The youth are exposed to sexually transmitted diseases.", "luganda": "Abavubuka bategeezeddwa ku ndwadde z'obukaba." }, { "english": "The youth should avoid gathering in crowded places.", "luganda": "Abavubuka balina okwewala okukunganira mu bifo ebirimu abantu abangi." }, { "english": "Almost one-fifth of adolescents girls in Africa get pregnant.", "luganda": "Kyenkana omuwala omu ku bataano abavuvuka mu Africa afuna olubuto." }, { "english": "With early pregnancies teenagers face a risk of delivery complications.", "luganda": "N'okufuna embuto nga tebannetuuka abatiini basanga obuzibu bw'okulemererwa okuzaala." }, { "english": "The senior woman empowered young girls with knowledge.", "luganda": "Omukyala omukugu yawadde abawala abato amagezi." }, { "english": "It is better to get prevention than shying away.", "luganda": "Kisingako okwetangira okusinga okuswala." }, { "english": "Family planning has helped girls to avoid early pregnancies.", "luganda": "Enkola y'ekizaalaggumba eyambye abawala okwewala embuto nga bakyali." }, { "english": "Teenage pregnancy is usually between the age of thirteen to nineteen.", "luganda": "Embuto z'abatiini zitera ku beera wakati w'emyaka ekkumi n'esaatu n'ekkumi n'omwenda." }, { "english": "There are many cases of defilement these days.", "luganda": "Waliwo emisango mingi egy'okusobya ku baana abatanneetuuka ennaku zino." }, { "english": "The youth are normally shy to open up about their sexual lives.", "luganda": "Abavubuka batera okubeera n'ensonyi okwogera ku bulamu bwabwe obukwata ku by'okwegatta." }, { "english": "There is an improvement of access to antenatal care services for pregnant women.", "luganda": "Waliwo okulongoosa mu kufuna obuweereza bwendabirira y'abakyala abali embuto." }, { "english": "Young girls are at a high risk of facing complications during birth.", "luganda": "Abawala abato bali mu katyabaga k'okufuna obuzibu nga bazaala." }, { "english": "During the pandemic times cases of teenage pregnancy increased.", "luganda": "Mu kaseera k'ekirwadde bbunansi emisango gy'embuto mu batiini gyeyongera." }, { "english": "Qualified doctors at the main hospital normally handle Caesarean sections.", "luganda": "Abasawo abakugu ku ddwaliro ekkulu batera ku kwasaganya bya kulongoosa." }, { "english": "Girls open up about their reproductive lives since they are reached one on one.", "luganda": "Abawala beebuulira kaati ku bulamu bwabwe obw'okuzaala nga beesanze omu ku omu." }, { "english": "Companies will risk losing out on opportunities if they fail to register.", "luganda": "Kkapuni zijja kufiirwa emikisa singa ziremererwa okwewandiisa." }, { "english": "The meeting was held with the oil companies in northern Uganda.", "luganda": "Olukungaana lwatuuzibwa ne kkampuni z'amafuta mu bukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "Companies in Western Uganda want to work with good suppliers.", "luganda": "Kkampuni mu buggwanjuba bwa Uganda zaagala kukola n'abagaba ebintu abalungi." }, { "english": "Government has pledged to supply water in that new district.", "luganda": "Gavumenti yeeyamye okusaansaanya amazzi mu disitulikiti empya." }, { "english": "Companies have been advised to register; otherwise they will not get the opportunities available.", "luganda": "Kkapuni ziweereddwa amagezi okwewandiisa oba si kyo zijja kufiirwa emikisa egiriwo." }, { "english": "Training opportunities are for the business community to learn how to register their businesses.", "luganda": "Emiskisa gy'okutendekebwa gy'abasuubuzi okuyiga engeri y'okuwandisaamu bizinesi zaabwe." }, { "english": "Leaders need to be transparent about their land compensation policies.", "luganda": "Abakulembeze beetaaga okuba abeerufu mu mateeka gaabwe ag'okuliyirira ab'ettaka." }, { "english": "They will employ the youth in that area.", "luganda": "Bajja kuwa abavubuka emirimu mu kitundu ekyo." }, { "english": "They should be able to provide good human resource policies.", "luganda": "Balina okuba nga basobola okuteekawo amateeka g'abakozi amalungi." }, { "english": "Individuals who meet the eligibility criteria will be employed.", "luganda": "Abantu abanaatuukiriza emitendera emituufu ajja kuweebwa omulimu." }, { "english": "A company has shown interest to work in Masaka.", "luganda": "Kkapuni eraze obwagazi okukolera e Masaka." }, { "english": "Oil companies need to explain all their policies in local languages.", "luganda": "Kkampuni z'amafuta zeetaaga okunnyonnyola enkola zaazo zonna mu nnimi ennansi." }, { "english": "While addressing the community they should be cautious about the language they use.", "luganda": "Nga boogera eri abantu balina okwegendereza olulimi lwe bakozesa." }, { "english": "They need to guide the community about the benefits they will receive.", "luganda": "Beetaaga okuuulira abantu ku miganyulo gye bajja okufuna." }, { "english": "The program is going to run an awareness campaign in the ceremony.", "luganda": "Pulogulaamu egenda kutambuza okumanyisibwa kw'omukolo." }, { "english": "The organization donated sanitary pads to primary seven girls.", "luganda": "Ekitongole kyatonedde abawala b'ekyomusanvu ppamba w'ekikyala." }, { "english": "They promised to donate more pads to girls in other classes once school reopen.", "luganda": "Baasuubizza okutonera abawala ppamba w'ekikyala mu bibiina ebirala ng'essomero ligguddewo." }, { "english": "They supported the children through the provision of basic scholastic materials.", "luganda": "Baayambako abaana nga bayita mu kubawa ebikozesebwa ku ssomero." }, { "english": "He will pay school fees for the best well-behaved pupils.", "luganda": "Agenda kusasulira abayizi abasinga okweyisa obulungi ebisale by'essomero." }, { "english": "Teachers received two million shillings to better their welfare during the pandemic.", "luganda": "Abasomesa baafuna obukadde bubiri okulongoosa ku mbeera yaabwe mu kaseera k'ekirwadde." }, { "english": "This plays a critical role in increasing teachers' devotion to work.", "luganda": "Kino kikola omulimo munene mu kwongeza obwagazi bw'abasomesa okukola." }, { "english": "The headteacher will also benefit from this project.", "luganda": "Omukulu w'essomero naye ajja kufuna mu pulojekiti eno." }, { "english": "The village chairperson is an old student of that school.", "luganda": "Ssentebe w'ekyalo yasomera ku ssomero eryo." }, { "english": "All teachers will be awarded if the pupils get first grades.", "luganda": "Abasomesa bonna bajja kusiimibwa singa abayizi bonna banaayitira mu ddaala erisooka." }, { "english": "She was rewarded for her outstanding contribution to the school academic performance.", "luganda": "Yasiimibwa olw'amaanyi amangi ge yateekamu mu by'ensoma by'essomero." }, { "english": "You should all work hard to excellence in your academics.", "luganda": "Mwenna mulina kukola n'amaanyi okuyita obulungi ebigezo byammwe." }, { "english": "No school can succeed without skilled teachers.", "luganda": "Tewali ssomero lisobola kuwangula nga teriyina basomesa bakugu." }, { "english": "Teenage pregnancy is a major interference to the educational achievement of girls.", "luganda": "Embuto z'abatiini kusoomoozebwa kunene mu kusoma kw'abawala." }, { "english": "The lockdown resulted in girls spending more time with boys and men.", "luganda": "Omuggalo gwaviirako abawala okumala obudde obungi n'abalenzi wamu n'abasajja." }, { "english": "Parent involvement helps to improve student behaviour in the classroom.", "luganda": "Okwenyigiramu kw'abazadde kiyamba okulongoosa empisa z'abayizi mu kibiina." }, { "english": "The old students of the school have donated scholastic materials.", "luganda": "Abayizi abaasomerako ku ssomero bawaddeyo ebikozesebwa ku ssomero." }, { "english": "The donation has come in the time when it's needed.", "luganda": "Obuyambi bujjidde mu kaseera we bwetagibwa." }, { "english": "The provision of these materials will help pupils to receive a quality education.", "luganda": "Okuweebwayo kw'ebintu bino kujja kuyamba abayizi okufuna okusoma okw'omutindo." }, { "english": "Thank you for helping us to become proud parents.", "luganda": "Weebale kutuyamba kubeera bazadde ebeenyumirizibwamu." }, { "english": "The poor performance was the result of teachers' absenteeism.", "luganda": "Okukola obubi kuva ku butabaawo kw'abasomesa." }, { "english": "Beekeeping is a potential source income for farmers.", "luganda": "Okulunda enjuki nsibuko ya nsimbi ennungi eri abalimi." }, { "english": "They have not got enough beekeeping training.", "luganda": "Tebafunye kutendekebwa kumala ku kulunda enjuki." }, { "english": "He wanted to get more training in beekeeping.", "luganda": "Yayagala okufuna okutendekebwa okulala mu kulunda enjuki." }, { "english": "The training emphasized working in harmony with nature.", "luganda": "Okuteendekebwa kwakkaatiriza okukolera awamu n'obutonde." }, { "english": "My brother has benefited a lot from using modern beehive.", "luganda": "Muganda wange aganyuddwa nnyo mu ku kozesa emizinga gy'enjuki egy'omulembe." }, { "english": "They volunteered for cleanups in their community.", "luganda": "Beewaayo okuyonja ekitundu kyabwe." }, { "english": "Youths from refugee camps have greatly participated in the activities.", "luganda": "Abavubuka okuva mu nkambi z'abanoonyiboobubudamu beetabye nnyo mu mirimu." }, { "english": "Honey from bees has health benefits.", "luganda": "Omubisi okuva mu njuki gulina emiganyulo gy'obulamu." }, { "english": "Teams were formed to help in sensitizing beekeeping in the community.", "luganda": "Ttiimu zaatondebwawo okuyamba mu kusomesa abantu mu kitundu ku kulunda enjuki." }, { "english": "It doesn't require a lot of capital to begin beekeeping.", "luganda": "Tekyetaagisa nsimbi nnyingi nnyo okutandika okulunda enjuki." }, { "english": "They will be trained for a specific period of time.", "luganda": "Bajja kutendekebwa okumala kaseera akagere." }, { "english": "Record keeping is essential in farming.", "luganda": "Okukuuma ebiwandiiko kya makulu nnyo mu bulimi." }, { "english": "It will create peace and understanding within the two groups.", "luganda": "Kijja kutondawo emirembe n'entegeeragana mu bibinja ebibiri." }, { "english": "Farming is also a source of income for refugees.", "luganda": "Obulimi nayo nsibuko ya ssente eri abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "Adolescents need life long skills to build better futures for themselves.", "luganda": "Abavubuka beetaaga obukugu okwezimbira ebiseera byabwe eby'omu maaso ebirungi." }, { "english": "They are sensitizing the youth to plant more trees.", "luganda": "Bali mu kusomesa bavubuka okusimba emiti emirala." }, { "english": "The campaign of tree planting will be extended to different parts of the district.", "luganda": "Kaweefube w'okusimba emiti ajja kwongezebwayo mu bitundu eby'enjawulo mu disitulikiti." }, { "english": "During dry season crops dry up.", "luganda": "Mu sizoni y'omusana ebirime bikala." }, { "english": "The funds will be transferred to the group bank account.", "luganda": "Ensimbi zijja kuteekebwa ku akaawunti ya bbanka ey'ekibinja." }, { "english": "Seedlings should be brought at the beginning of the wet season.", "luganda": "Endokwa zirina okuleetebwa ku ntandikwa ya sizoni y'enkuba." }, { "english": "Mothers are grateful for the renovation of the maternity ward.", "luganda": "Bamaama basiimu olw'okuddaabirizibwa kw'ekisenge omuzaalirwa." }, { "english": "The group works in every area of development.", "luganda": "Ekibinja kikola mu buli kitundu ky'enkulaakulana." }, { "english": "It was to honour the women who die of complications during pregnancy and childbirth.", "luganda": "Kwali kusiima abakyala abafa olw'obuzibu bwe bafuna nga bali embuto ne mu kuzaala." }, { "english": "Many people and organisations give up funds for charity.", "luganda": "Bantu bangi n'ebitongole biwaayo ensimbi z'obuyambi." }, { "english": "Hospitals must have water and power in every ward.", "luganda": "Amalwaliro galina okubeera n'amazzi n'amasanyalazze mu buli kasenge." }, { "english": "Donations support hospital operations.", "luganda": "Obuyambi buyamba ku mirimu gy'omuddwaliro." }, { "english": "There is always something to be given away on a handover ceremony.", "luganda": "Waberawo ekintu eky'okugaba ku mukulo gw'okukyusa obukulembeze." }, { "english": "How can health service delivery be improved?", "luganda": "Empereza y'ebyobulamu esobola etya okutumbulwa?" }, { "english": "Through corporate social responsibility organisations can reach out to the community.", "luganda": "Mu kuyita mu buvunaanyizibwa obwa wamu ebitongole bisobola okutuukirira abantu mu kitundu." }, { "english": "What does it take for a project to succeed in a given community?", "luganda": "Kitwala ki pulojekiti okuyitamu mu kitundu?" }, { "english": "It is greatly reputable for an organisation to do corporate social responsibility.", "luganda": "Kyoleka ekifaananyi ekirungi eri ekitongole okukola obuvunaanyizibwa obwa wamu." }, { "english": "Hospitals should employ enough medical officers to operate efficiently.", "luganda": "Amalwaliro galina okuwa emirimu abasawo abamala okukola obulungi." }, { "english": "More birth rates lead to an increase in population.", "luganda": "Okuzaala ennyo kuleetera abantu okweyongera mu bungi." }, { "english": "What are some of the challenges women face in accessing maternal services?", "luganda": "Bisomooza ki abakyala bye basanga nga bagezaako okufuna obulabirizi ku kuzaala?" }, { "english": "Health centres provide health services to all kinds of people.", "luganda": "Amalwaliro gawa obujjanjabi eri buli kika ky'abantu." }, { "english": "Most presidential candidates are attached to a political party.", "luganda": "Abeesimbyewo ku bukulembeze bw'eggwanga abasinga balina ebibiina by'obufuzi." }, { "english": "What is the necessity of holding party primary elections?", "luganda": "Bweetavu ki obw'okuteekawo obumyufu bw'ekibiina?" }, { "english": "All leadership comes from God.", "luganda": "Obukulembeze bwonna buva eri Mukama." }, { "english": "What are the indicators of mature politics?", "luganda": "Biki ebiraga endowooza y'ekikulu mu by'obufuzi?" }, { "english": "Our actions send a message to those around us.", "luganda": "Ebikolwa byaffe bisindika obubaka eri abo abatulinaanye." }, { "english": "How can we overcome unemployment among the youths?", "luganda": "Tuyinza tutya okumalawo ebbula ly'emirimu mu bavubuka?" }, { "english": "Skills equip one with the ability to be employed or self-employed.", "luganda": "Obukugu bukusobozesa okuweebwa omulimu oba okwekozesa." }, { "english": "How can we eradicate poverty in Uganda?", "luganda": "Tuyinza tutya okumalawo obwavu mu Uganda?" }, { "english": "Some people steal because they do not have money to meet their basic needs.", "luganda": "Abantu abamu babba kubanga tebayina nsimbi kwetusaako byetaago bikulu." }, { "english": "Political parties need to empower their members.", "luganda": "Ebibiina by'obufuzi byetaaga okuwa bannabibiina amaanyi." }, { "english": "Discipline is also needed in politics.", "luganda": "Empisa nazo zeetagisibwa mu by'obufuzi." }, { "english": "There is an increasing number of coronavirus patients.", "luganda": "Omuwendo gw'abalwadde b'akawuka ka kolona gweyongera." }, { "english": "Given the size of the hospital most of them have limited bed capacity.", "luganda": "Okusinziira ku bunene bw'eddwaliro agamu gayina ebifo ebigendamu ebitanda ebitono." }, { "english": "Under what circumstances can a hospital refer a patient to another hospital?", "luganda": "Mu mbeera ki eddwaliro mwe lisobolera okusindika omulwadde mu ddwaliro eddala?" }, { "english": "Some patients can be treated from home.", "luganda": "Abalwadde abamu basobola okujjanjabirwa ewaka." }, { "english": "There various ways of reaching treatment to patients.", "luganda": "Waliwo engeri ez'enjawulo ez'okutusaamu obujjanjabi eri abalwadde." }, { "english": "Standard operating procedures must be followed to prevent coronavirus spread.", "luganda": "Empenda ezaateekebwawo okutangira akawuka ka kolona zirina okugobererwa." }, { "english": "Careless health workers are the ones that get infected with diseases.", "luganda": "Abasawo abatafaayo beebo abakwatibwa endwadde." }, { "english": "How can we control the increasing number of infections?", "luganda": "Tuyinza ku kendeeza tutya omuwendo gw'abakwatibwa okweyongera?" }, { "english": "Tent based space could help increase the number of patients attended to.", "luganda": "Ebbanga erikolebwa weema lisobola okuyamba okwongeza omuwendo gw'abalwadde abakolebwako." }, { "english": "Appreciate your staff for the work done.", "luganda": "Siima abakozi bo ku lw'omulimu ogukoleddwa." }, { "english": "Could be some patients die of other diseases and not coronavirus.", "luganda": "Kyandiba ng'abalwadde abamu bafa olw'endwadde endala nga si kawuka ka kolona." }, { "english": "The government spends quite a lot of money on compensations.", "luganda": "Gavumenti esaasaanya ensimbi nyingi ku kuyiririra." }, { "english": "Wars negatively affect business operations.", "luganda": "Entalo zikosa nnyo entambuza y'obusuubuzi." }, { "english": "The attorney general is the principal legal adviser to the government of Uganda.", "luganda": "Ssaabawolereza muwi w'amagezi ku by'amateeka eri gavumenti ya Uganda." }, { "english": "It is more official to put your request in writing.", "luganda": "Kya kikungu nnyo okuteeka okusaba kwo mu buwandiike." }, { "english": "A plaintiff is a person who brings a case against another in a court law.", "luganda": "Omuwaabi ye muntu awaaba omusango mu mbuga z'amateeka." }, { "english": "Leaders ought to serve their subordinates.", "luganda": "Abakulembeze basaana okuweereza be bakulembera." }, { "english": "Those in government embezzle most government money.", "luganda": "Abo abali mu gavumenti bakumpanya ensimbi za gavumenti ezisinga." }, { "english": "There is a lot of bureaucracy in government operations.", "luganda": "Waliwo okugoberera emitendera mu nkola za gavumenti." }, { "english": "Some promises are never fulfilled.", "luganda": "Ebisuubizo ebimu tebituukirizibwa." }, { "english": "Rebels are ruthless.", "luganda": "Abayeekera tebalina kisa." }, { "english": "Leaders should be mindful of whom they delegate tasks to.", "luganda": "Abakulembeze balina okwegendereza abo be bawa emirimu." }, { "english": "Loss of merchandise interrupts business operations.", "luganda": "Okubula eby'okugula n'okutunda kitataaganya entambula y'obusuubuzi." }, { "english": "What causes refugees to clash with host communities?", "luganda": "Biki ebiviirako abanoonyiboobubudamu okukuubagana n'ebitundu mwe babatadde." }, { "english": "Be mindful of the decisions you make.", "luganda": "Beera mwegendereza ku by'osalawo." }, { "english": "Aim to live peacefully with everyone in the community.", "luganda": "Genderera okubeera mu mirembe na buli omu mu kitundu." }, { "english": "Leaders should aim to unite people.", "luganda": "Abakulembeze balina okugenderera okugatta abantu." }, { "english": "Some issues if not managed at the initial stages they can go out of hand.", "luganda": "Ensonga ezimu bwe zitakwatwa bulungi ku ntandikwa zisobola okugootana." }, { "english": "How can we peacefully coexist with others?", "luganda": "Tuyinza tutya okubeerawo mu mirembe n'abalala?" }, { "english": "Leaders ought to condemn brutal acts in society.", "luganda": "Abakulembeze basaanye bavumirire ebikolwa by'obukambwe mu kitundu." }, { "english": "What is the role of cultural leaders in the community?", "luganda": "Mugaso ki ogw'abakulembeze b'ebyobuwangwa mu kitundu?" }, { "english": "Revengeance leads to disunity.", "luganda": "Okuwoolera okusukiridde kuleeta okwawukana." }, { "english": "What causes conflicts among people?", "luganda": "Ki ekireetawo obukuubagano mu bantu?" }, { "english": "Cultural leaders are significant people in the community.", "luganda": "Abakulembeze b'ebyobuwangwa bamugaso mu kitundu." }, { "english": "Good acts are needed in every society.", "luganda": "Ebikolwa ebirungi byetaagisa mu buli kitundu." }, { "english": "Market vendors were involved in a riot.", "luganda": "Abatunda mu katale beetabye mu kwekalakaasa." }, { "english": "The choice is up to you.", "luganda": "Okusalawo kuli gy'oli." }, { "english": "A death sentence is a sentence condemning a convicted defendant to death.", "luganda": "Omusango gw'okutta musango ogusalirwa omuntu asingisiddwa ogw'okutta." }, { "english": "These days kidnapped children are eventually killed.", "luganda": "Ennaku zino abaana abawambibwa battibwa." }, { "english": "People living with albinism should be treated equally with others.", "luganda": "Banamagoye balina kuyisibwa kyenkanyi n'abalala." }, { "english": "Suspects should be thoroughly investigated.", "luganda": "Abateeberezebwa okuba n'emisango balina okunoonyerezebwako ddala." }, { "english": "Bills are passed by parliament.", "luganda": "Embalirira eyisibwa paalamenti." }, { "english": "What is the role of the ministry of finance in Uganda?", "luganda": "Minisitule y'ebyensimbi ekola mulimo ki mu Uganda?" }, { "english": "Murder is a criminal offence punishable by law.", "luganda": "Obutemu musango gwa nnaggomola era gukangavvulwa mu mateeka." }, { "english": "Laws have been established to prevent people from killing others.", "luganda": "Amateeka gayisiddwa okutangira abantu okutemula abalala." }, { "english": "Could be politicians are behind the increasing number of human sacrifices.", "luganda": "Kyandiba nga bannabyabufuzi bali mabega w'okweyongera kw'okusaddakibwa kw'abantu." }, { "english": "Witchcraft is bad and evil.", "luganda": "Obulogo bubi era bwa masitaani." }, { "english": "People can always turn away from their ungodly ways.", "luganda": "Abantu basobola okukyuka okuva ku bikolwa byabwe ebitali bya bwa katonda." }, { "english": "An obligation is something one is bound to do.", "luganda": "Obuvunaanyizibwa ky'eyo omuntu ky'ateekeddwa okukola." }, { "english": "Human sacrifices are due to the ungodly nature of people.", "luganda": "Okusadaka abantu kiva ku bikolwa ebitali bya bwa Katonda mu bantu." }, { "english": "Ritual sacrifices are satanic.", "luganda": "Ebikolwa by'okusadaaka bya masitaani." }, { "english": "Laws should be established in the fight against child sacrifice.", "luganda": "Amateeka galina okubagibwa mu kulwanyisa kisaddaaka baana." }, { "english": "One below the age of eighteen years is considered underage.", "luganda": "Alina emyaka egiri wansi w'ekkumi n'omunaana atwalibwa ng'omuto." }, { "english": "In Uganda a man must give dowry to the girl's parents.", "luganda": "Mu Uganda omusajja alina okuwayo ebirabo eri abazadde b'omuwala." }, { "english": "Women should be respected and given equal opportunities like men.", "luganda": "Abakyala balina okuweebwa ekitiibwa n'emikisa gyegimu ng'abasajja." }, { "english": "The community should be acknowledged on the dangers of early marriages.", "luganda": "Ekitundu kirina okutegeezebwa ku bibi by'okufimbirwa amangu." }, { "english": "All leaders must aim at fighting child marriages.", "luganda": "Abakulembeze bonna balina okugenderera okulwanyisa abaana okufumbirwa." }, { "english": "Polygamy is when a man has more than one wife at the same time.", "luganda": "Okuwasa abakazi abangi weewo nga omusajja alina omukyala asukka mw'omu mu kaseera ke kamu." }, { "english": "A responsible parent is one that rightly guides his child regarding life matters.", "luganda": "Omuzadde ow'obuvunaanyizibwa y'oyo alungamya omwana we ku nsoga ezikwata ku bulamu." }, { "english": "Some family planning methods can be used to prevent teenage pregnancy.", "luganda": "Enkola z'ekizaala ggumba ezimu zisobola okutangira embuto mu battiini." }, { "english": "Money enforces things to be done.", "luganda": "Ensimbi zikaka ebintu okukolebwa." }, { "english": "Who is a teenager?", "luganda": "Ani mutiini?" }, { "english": "Teenage pregnancies make young girls mothers at a very early stage of their life.", "luganda": "Embuto mu battiini zifuula abawala abato ba maama ku myaka gyabwe emito egy'obulamu bwabwe." }, { "english": "Defilement is also a criminal offence.", "luganda": "Obusobya ku muntu ataneetuuka nagwo musango gwa nnaggomola." }, { "english": "Organisations have come up to empower young women in the community.", "luganda": "Ebitongole bivuddeyo okuwa amaanyi abakyala abato mu kitundu." }, { "english": "Women need to go into marriage when physically and mentally ready.", "luganda": "Abakyala beetaaga okugenda mu bufumbo nga emibiri n'ebirowozo byabwe byetegefu." }, { "english": "Every organisation has a specific area of operation.", "luganda": "Buli kitongole kirina obumanyirivu bwakyo." }, { "english": "Are political primary elections necessary?", "luganda": "Obumyufu bw'ebibiina bwetaagisa?" }, { "english": "Elections are done on specific dates.", "luganda": "Okulonda kukolebwa ku nnaku ez'enjawulo." }, { "english": "Is a warning a threat or?", "luganda": "Okulabula kutiisa oba?" }, { "english": "Elections usually end in violence.", "luganda": "Okulonda kuteera kuggwera mu buvuyo." }, { "english": "Competitions involve more than one participant.", "luganda": "Okuvuganya kwetabwamu abantu abasukka mu omu." }, { "english": "Political party activities must abide by the law.", "luganda": "Ebikolwa by'ebibiina by'obufuzi birina okugondera amateeka." }, { "english": "Police maintain law and order in society.", "luganda": "Poliisi erina okukuuma amateeka n'ebiragiro mu kitundu." }, { "english": "Alcohol is not for those below the age of eighteen years.", "luganda": "Omwenge si gwabo abali wansi w'emyaka ekkumi n'omunaana." }, { "english": "Today is the day for elections.", "luganda": "Leero lwe lunaku lw'okulonda." }, { "english": "Children below the age of eighteen are not eligible voters.", "luganda": "Abaana abali wansi w'emyaka ekkumi n'omunaana tebasaanidde kulonda." }, { "english": "They protect people and their property.", "luganda": "Bakuuma abantu n'ebintu byabwe." }, { "english": "She wants to retain the seat next year.", "luganda": "Ayagala kusigaza ekifo omwaka oguja." }, { "english": "The election process was unfair in many parts of the country.", "luganda": "Enkola y'okulonda teyali ya bwenkanya mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo." }, { "english": "Many parents rural areas force young girls into marriage.", "luganda": "Abazadde bangi mu byalo bakaka abawala abato mu bufumbo." }, { "english": "Such parents should be punished.", "luganda": "Abazadde ng'abo balina okubonerezebwa." }, { "english": "Many girls are dropping out of school due to the pandemic.", "luganda": "Abawala bangi bava mu masomero olw'ekirwadde." }, { "english": "This requires a joint effort to be stopped completely.", "luganda": "Kino kyeetaga amaanyi ag'awamu okukomekerezebwa ddala." }, { "english": "There are communities which totally support these marriages.", "luganda": "Waliwo ebitundu ebiwagirira ddala obufumbo buno." }, { "english": "Religious leaders are supposed to guide parents on such practices.", "luganda": "Abakulembeze b'amadiini batekeddwa okulungamya abazadde ku bikolwa ebyo." }, { "english": "Girls and women are tortured by men every day.", "luganda": "Abawala n'abakyala batulugunyizibwa abasajja buli lunaku." }, { "english": "Most cultures in Uganda favour men over women when it comes to marriage.", "luganda": "Amawanga agasinga mu Uganda gakulembeza nnyo abaami okusinga abakazi bwekituuka ku bufumbo." }, { "english": "Marriage life has changed a lot in this generation.", "luganda": "Obulamu bw'obufumbo bukyuse nnyo ku mulembe guno." }, { "english": "Women are humans not animals.", "luganda": "Abyakala bantu si bisolo." }, { "english": "Women were created in God's image so they deserve to be respected.", "luganda": "Abakyala baatondebwa mu kifaananyi kya Katonda N'olwekyo bateekeddwa okuweebwa ekitiibwa." }, { "english": "Youth have got serious mental illnesses due to drugs.", "luganda": "Abavubuka bafunye obulwadde bw'okubwongo olw'okukozesa ebiragala." }, { "english": "Poor upbringing has contributed to this.", "luganda": "Enkuza embi y'eleese bino." }, { "english": "It is not an easy task to the end.", "luganda": "Si mulimu mwangu okutuusa ku nkomerero." }, { "english": "Local leaders should penalize the families involved in early marriages.", "luganda": "Abakulembeze b'ebyalo balina okuvunaana amaka ageenyigira mu bufumbo bw'abaana." }, { "english": "They told them everything that happened during the voting exercise.", "luganda": "Baabagamba buli kimu ekyatuukawo mu kaseera k'okulonda." }, { "english": "Some people were injured during the process.", "luganda": "Abantu abamu baakosebwa mu kaseera ako ." }, { "english": "The officials found their work difficult during the voting process.", "luganda": "Abakungu baasanga omulimu gwabwe nga mukalubu mu kulonda." }, { "english": "Some voters were non-residents of the community.", "luganda": "Abalonzi abamu tebaali batuuze ba mu kitundu" }, { "english": "Cheating was in broad daylight.", "luganda": "Okubba kwali kwa misana tuku." }, { "english": "The voting process was interrupted.", "luganda": "Enteekateeka z'okulonda zaatataaganyizibwa." }, { "english": "The underage also took part in the voting process.", "luganda": "N'abato beetaba mu kulonda." }, { "english": "The voting results were forged.", "luganda": "Ebyaava mu kulonda byajingirirwa." }, { "english": "Despite everything that happened they still won the elections.", "luganda": "Newankubadde byonna byaliwo baasigala bawangudde akalulu." }, { "english": "He put the whole blame on the presiding officers.", "luganda": "Yateeka okunenyezebwa kwonna ku bakulira abalondesa." }, { "english": "He did everything possible to win in his parish.", "luganda": "Yakola buli kimu ekisoboka okuwangula mu muluka ggwe." }, { "english": "This case was reported to the police.", "luganda": "Omusango guno gwalopebwa ku poliisi." }, { "english": "This behaviour tarnished the image of the party.", "luganda": "Enneyisa eno yayonoona ekifaananyi ky'ekibiina." }, { "english": "He is a devoted member of the party.", "luganda": "Munnakibiina eyeewayo eri ekibiina." }, { "english": "The party leader is not happy with some members.", "luganda": "Omukulembeze w'ekibiina simusanyufu ne bannakibiina." }, { "english": "Teachers have been badly affected by the pandemic.", "luganda": "Abasomesa bakoseddwa nnyo olw'ekirwadde." }, { "english": "They want to get assistance from the government.", "luganda": "Baagala kufuna buyambi okuva eri gavumenti." }, { "english": "Private teachers' have their main office in Kampala.", "luganda": "Abasomesa abatakolera gavumenti bayina yafeesi yaabwe mu Kampala." }, { "english": "The committee was put in place to run the activities of the group.", "luganda": "Akakiiko katekebwawo okudukanya emirimu gy'ekibiina." }, { "english": "This pandemic has made their lives hard.", "luganda": "Ekirwadde kino kibakaluubirizza obulamu." }, { "english": "It has opened the eyes of private teachers always to plan.", "luganda": "Kizibudde amaaso g'abasomesa abatali ba gavumenti okutekatekanga." }, { "english": "Most of these teachers are surviving on loans.", "luganda": "Abasinga ku basomesa bano babeerawo ku mabanja." }, { "english": "These teachers have been very patient.", "luganda": "Abasomesa bano babadde bagumiikiriza nnyo." }, { "english": "The minister advised teachers to be united to achieve their goals.", "luganda": "Minisita yawabudde abasomesa okwegatta awamu batuuke ku biruubirirwa byabwe." }, { "english": "They also deserve to live happily like other workers.", "luganda": "Nabo basaana okuwangaala nga basanyufu ng'abakozi abalala." }, { "english": "This pandemic period is an opportunity for them to organize themselves.", "luganda": "Akaseera k'ekirwadde kano mukisa gye bali okweetereza." }, { "english": "All members are called upon to be very active in group activities.", "luganda": "Bammemba bonna bayitiddwa okwenyigira mu mirimu gy'ekibinja." }, { "english": "The educational officer advised them to remain committed despite the challenges they face.", "luganda": "Omukungu w'eby'enjigiriza yabawabudde okusigala nga bamalirivu newankubadde basanga ebisoomoza." }, { "english": "A teaching job is a calling to national service.", "luganda": "Omulimu gw'okusomesa kuyitibwa eri obuweereza bw'eggwanga." }, { "english": "Teachers can also own shops to supplement their income.", "luganda": "Abasomesa nabo basobola okubeera n'amadduuka okwongereza ku nyingiza yabwe." }, { "english": "A single income is not enough for basic needs.", "luganda": "Enyingiza emu temala byeetago by'amakulu." }, { "english": "Engaging in agriculture assures a steady food supply to teachers' families.", "luganda": "Okwenyigira mu bulimirunzi kikakasa okubawo kw'emmere eri amaka g'abasomesa." }, { "english": "People are not ready to follow his orders.", "luganda": "Abantu si beetegefu kugoberera biragiro bye." }, { "english": "Forest officers need to be guarded against people's attacks.", "luganda": "Abakungu b'ebibira beetaaga okukuumibwa okuva obulumbaganyi bw'abantu." }, { "english": "They have stayed on this land for a long time.", "luganda": "Babadde ku ttaka lino okumala akaseera kawanvu." }, { "english": "The residents have set a condition for him.", "luganda": "Abatuuze bamuteereddewo akakwakulizo." }, { "english": "They need proof of land ownership.", "luganda": "Beetaaga obukakafu ku bwa nannyini ku ttaka." }, { "english": "The youth are ready to join their leaders to fight for this land.", "luganda": "Abavubuka beetegefu okweyunga ku bakulembeze baabwe okulwanirira ettaka lino." }, { "english": "It is likely to affect the politics of the district.", "luganda": "Kirabisse okukosa ebyobufuzi bya disitulikiti." }, { "english": "Why didn't the government tell us in time?", "luganda": "Lwaki gavumenti teyatugamba mu budde?" }, { "english": "He hid the information from us.", "luganda": "Yatukweeka amawulire." }, { "english": "The residents are not ready to leave the land.", "luganda": "Abatuuze si beetegefu kuva ku ttaka." }, { "english": "Those are false accusations against him.", "luganda": "Ebyo babimusibyeko busibi." }, { "english": "Efforts were made to find out the truth behind this conflict.", "luganda": "Kaweefube yakolebwa okuzuula amazima agali emabega w'emirerembe." }, { "english": "Leaders have taken this issue to bigger offices but achieved nothing.", "luganda": "Abakulembeze battute ensonga eno mu yafeesi ennene naye era tebayina kye bafunye." }, { "english": "The truth is that the land belongs to the government.", "luganda": "Amazima gali nti ettaka lya gavumenti." }, { "english": "Selfish people gear the conflict.", "luganda": "Abantu abeeyagaliza bokka bakuma omuliro mu kakuubagano." }, { "english": "These residents were warned about the state of their settlement.", "luganda": "Abatuuze bano baalabulwa ku busenze bwabwe." }, { "english": "Cowards already left the land a long time ago.", "luganda": "Abatiitiizi baava dda ku ttaka." }, { "english": "Planting of more trees will increase rainfall in the district.", "luganda": "Okusimba emiti emirala kijja kwongeza ku nkuba mu disitulikiti." }, { "english": "Peaceful means of solving this issue is better than violence.", "luganda": "Engeri ey'emirembe ey'okugonjoola ensonga eno esinga akavuyo." }, { "english": "Timber is very useful to people.", "luganda": "Embaawo za mugaso nnyo eri abantu." }, { "english": "Residents time to stay on this land is over.", "luganda": "Akadde k'abatuuze okubeera ku ttaka lino kaweddeko." }, { "english": "They had covered a larger area of the land.", "luganda": "Baali baabika ekitundu kinene eky'ettaka." }, { "english": "The government gave this man permission over the land.", "luganda": "Gavumenti yawa omusajja ono olukusa ku ttaka." }, { "english": "Church leaders have met the minister to talk about the reopening.", "luganda": "Abakulembeze b'ekanisa basisinkanye Minisita okwogera ku kuggulawo." }, { "english": "Churches have many income-generating activities.", "luganda": "Amakanisa gayina emirimu mingi egivaamu ssente." }, { "english": "They have continued to preach the word of God despite the pandemic challenges.", "luganda": "Bongedde okubuulira ekigambo kya Katonda newankubadde waliwo okusoomozebwa kw'ekirwadde." }, { "english": "People are now praying through the media.", "luganda": "Abantu kati basabira ku mikutu gya mpuliziganya." }, { "english": "Church leaders have preached words of encouragement and hope to people.", "luganda": "Abakulembeze b'ekkanisa babuuliridde abantu ebigambo by'okugumya n'essuubi." }, { "english": "How many regional referral hospitals do we have in Uganda?", "luganda": "Malwaliro ameka ag'ebitundu awasindikibwa abayi getuyina mu Uganda?" }, { "english": "Curfew was put in place with immediate effect.", "luganda": "Ekkomo ku budde lyateekebwawo mu bunnambiro." }, { "english": "We have two weeks to exams.", "luganda": "Tuyina wiiki bbiri okutuuka ku bigezo." }, { "english": "Police are patrolling the area.", "luganda": "Poliisi eri mu kulawuna ekitundu." }, { "english": "What were your research findings?", "luganda": "Okunoonyereza kwo kwazula ki?" }, { "english": "What are your medical results?", "luganda": "Ebibyo ebyava mu ddwaliro bigamba ki?" }, { "english": "Many people are infected with the coronavirus.", "luganda": "Bantu bangi bakwatiddwa akawuka ka kolona." }, { "english": "Coronavirus pandemic has affected our business operations.", "luganda": "Ekirwadde bbunansi eky'akawuka ka kolona kikosezza entambula ya bizinensi zaffe." }, { "english": "How many dependants do you have?", "luganda": "Oyina abakwesigamako bameka?" }, { "english": "Pandemic diseases have killed a lot of people.", "luganda": "Endwadde bunnansi zisse abantu bangi." }, { "english": "I will be briefing the press this evening.", "luganda": "Nja kuba njoegerako eri bannamawulire akawungenzi kano." }, { "english": "People affected with coronavirus have to be quarantine for two weeks.", "luganda": "Abantu abayina akawuka ka kolona balina okuteekebwa mu kkalantiini okumala wiiki bbiri." }, { "english": "Take your drugs on time and you will be healed.", "luganda": "Mira eddagala lyo mu budde ojja kuwona." }, { "english": "The country is on the lockdown.", "luganda": "Ensi eri ku muggalo." }, { "english": "We have the highest confirmed cases of coronavirus.", "luganda": "Tuyina abalwadde b'akawuka ka kolona abakakasidda abakyasinze obungi." }, { "english": "Why are you using traditional medicine?", "luganda": "Lwaki okozesa eddagala ly'ekinnansi?" }, { "english": "There is no cure or medicine for coronavirus.", "luganda": "Tewaliiwo kiwonya oba ddagala ly'akawuka ka kolona." }, { "english": "Follow the standard guidelines in order to prevent the spread of coronavirus.", "luganda": "Goberera ebiragiro ebitongole okusobola okutangira okusaasaana kw'akawuka ka kolona." }, { "english": "The government needs to review how to deliver services to the people.", "luganda": "Gavumenti yetaaga okwekenneenya engeri y'okutusaamu obuweereza eri abantu." }, { "english": "How can we dodge this traffic?", "luganda": "Tusobola tutya okusala ku kalippagano kano?" }, { "english": "How many coronavirus cases do we have?", "luganda": "Tulina abalwadde b'akawuka ka kolona bameka?" }, { "english": "We need the accountability of funds given to you.", "luganda": "Twetaaga embalirira y'ensimbi ezakuweebwa." }, { "english": "Health workers should be given allowances.", "luganda": "Abakozi mu ddwaliro balina okuweebwa ssente ez'obukozi buli lunaku." }, { "english": "How many funds did the hospital receive from government?", "luganda": "Eddwaliro lyafuna ssente mmeka okuva mu gavumenti." }, { "english": "The hospital is under renovation.", "luganda": "Eddwaliro liri mu kuddaabirizibwa." }, { "english": "Which payment should I use?", "luganda": "Nsasula ki gyemba nkozesa?" }, { "english": "Coronavirus is not a deadly disease.", "luganda": "Akawuka ka kolona si bulwadde bukambwe." }, { "english": "What amount is on that receipt?", "luganda": "Muwendo ki oguli ku lisiiti?" }, { "english": "Doctors have taken long without getting paid.", "luganda": "Abasawo baludde nga tebasasulwa." }, { "english": "It is very cold outside?", "luganda": "Wabweru wanyogovu nnyo?" }, { "english": "We don't have money.", "luganda": "Tetuyina ssente." }, { "english": "What treatment is given to coronavirus patients?", "luganda": "Bujjanjabi ki obuweebwa abalwadde b'akawuka ka kolona?" }, { "english": "We need more funds.", "luganda": "Twetaaga ssente endala." }, { "english": "The task force presented their accountability to the government.", "luganda": "Akakiiko akakubirizi kaalagayo embalirira yako eri gavumenti." }, { "english": "Don't risk walking at night alone.", "luganda": "Togezesa kutambula weka ekiro." }, { "english": "What is the expenditure?", "luganda": "Ensaasaanya eri etya?" }, { "english": "What are the causes of food shortage?", "luganda": "Ki ekireeta ebbula ly'emmere?" }, { "english": "When will you be discharged from the hospital?", "luganda": "Ogenda kusiibulwa ddi okuva mu ddwaliro?" }, { "english": "Why are you so emotional.", "luganda": "Lwaki ova mangu mu mbeera?" }, { "english": "More jobs have been created.", "luganda": "Emirimu mingi gitondeddwawo." }, { "english": "Which treatment did the doctor give you?", "luganda": "Omusawo yakuwadde bujjanjabi ki?" }, { "english": "When are they electing women councillors?", "luganda": "Balonda ddi ba kansala b'abakyala?" }, { "english": "Everyone deserves equal opportunities.", "luganda": "Buli omu yeetaga emikisa gye gimu." }, { "english": "Discrimination is everywhere and we must fight together to end it.", "luganda": "Obusosoze buli buliwamu era tulina okulwanira wamu okubukomya." }, { "english": "Which district are you representing?", "luganda": "Okiikirira disitulikiti ki?" }, { "english": "If you think education is expensive try ignorance.", "luganda": "Bwoba olowooza nti okusoma kwa bbeyi gezaako obutamanya." }, { "english": "What have you achieved in the past years?", "luganda": "Ofunye ki mu myaka egiyise?" }, { "english": "Babies are blessings from God.", "luganda": "Abaana mikisa okuva eri mukama." }, { "english": "The law must be implemented.", "luganda": "Eteeka lirina okuteekebwa mu nkola." }, { "english": "Guidelines must be followed.", "luganda": "Endagiriro erina okugobererwa." }, { "english": "We want a peaceful transition of power.", "luganda": "Twetaaga okukyusa kw'obuyinza okw'emirembe." }, { "english": "The national budget will be read today.", "luganda": "Embalirira y'eggwanga ejja kusomebwa leero." }, { "english": "Youths are encouraged to work hard.", "luganda": "Abavubuka bakubirizibwa okukola ennyo." }, { "english": "The government is fighting against gender-based violence by sensitizing the public.", "luganda": "Gavumenti eri mu kulwanyisa okutulugunyizibwa okwesigama ku kikula ky'omuntu ng'eyigiriza abantu." }, { "english": "We should not allow any kind of discrimination.", "luganda": "Tetulina kukkiriza kusosolebwa kwa ngeri yonna." }, { "english": "My application has been rejected.", "luganda": "Okusaba kwange kugaaniddwa." }, { "english": "What are the causes of depression?", "luganda": "Ki ekireeta okwenyika?" }, { "english": "Married people should resolve their disagreements.", "luganda": "Abafumbo balina okugonjoola obutakwatagana bwabwe." }, { "english": "You should go for counselling.", "luganda": "Olina okugenda okubuulirira." }, { "english": "Marriage is for grown-up people.", "luganda": "Obufumbo bwa abantu bakulu." }, { "english": "What are my cultural beliefs?", "luganda": "Byabuwangwa bwange bukkiririza mu ki?" }, { "english": "People are suffering from depression.", "luganda": "Abantu balwala okwenyikira mu mutima." }, { "english": "We all have different backgrounds.", "luganda": "Ffena tulina obuvo bwa njawulo." }, { "english": "Why teenage pregnancy is a problem?", "luganda": "Lwaki embuto mu batiini kizibu?" }, { "english": "Will you participate in the competition?", "luganda": "Oneetaba mu kuvuganya?" }, { "english": "What are the roles of diocesan leaders?", "luganda": "Ssaabasumba alina mirimu ki?" }, { "english": "Diocese is head by the Bishop.", "luganda": "Obusumba bukulirwa mwepisikoopi." }, { "english": "Early pregnancy is bad.", "luganda": "Okufuna embuto nga bukyali kibi." }, { "english": "Next year we will have a general election.", "luganda": "Omwaka ogujja tujja kuba n'okulonda okwa bonna." }, { "english": "When are you paying me back my money?", "luganda": "Onsasula ddi ssente zange?" }, { "english": "Political parties have presented their candidates.", "luganda": "Ebibiina by'obufuzi bireese abesimbyewo." }, { "english": "She sacrificed her goat to the ancestors.", "luganda": "Yasaddako embuzi ye mu ba jjaja." }, { "english": "Elderly should be given high positions in this country.", "luganda": "Abakuze mu myaka balina okuweebwa ebifo ebinene mu ggwanga." }, { "english": "You need to drink a lot of water.", "luganda": "Wetaaga okunywa amazzi mangi." }, { "english": "My son is born blind.", "luganda": "Mutabani wange azaliddwa muzibe." }, { "english": "My grandson is very creative.", "luganda": "Muzukulu wange muyiiya nnyo." }, { "english": "We are going to launch the campaign in the next few hours.", "luganda": "Tugenda kutongoza olukungaana mu ssaawa ntono." }, { "english": "The government is introducing new taxes.", "luganda": "Gavumenti eri mu kuleeta misolo mipya." }, { "english": "Where is your home located?", "luganda": "Amaka gammwe gasangibwawa?" }, { "english": "We must fight coronavirus.", "luganda": "Tulina okulwanyisa akawuka ka kolona." }, { "english": "Human rights organisation are suing the police for its brutality.", "luganda": "Ekitongole ky'eddembe ly'obuntu bali mu mukuwabira poliisi olw'obukambwe bwayo." }, { "english": "District returning office declared the winner of the elections.", "luganda": "Omukungu w'akakiiko k'ebyokulonda ku disitulikiti yalangirira omuwanguzi w'akalulu." }, { "english": "Our legal team is comprised of five lawyers.", "luganda": "Ekibinja kyaffe ekya bannamateeka kikolebwa ba puliida bataano." }, { "english": "Where is the venue?", "luganda": "Ekifo kiri wa?" }, { "english": "We must follow electoral commission guidelines.", "luganda": "Tulina okugoberera endagiriro y'akakiiko k'ebyokulonda." }, { "english": "How many professional courses have you done?", "luganda": "Okoze kkoosi z'ekikugu mmeka?" }, { "english": "The electoral commission needs funds from the government to prepare elections.", "luganda": "Akakiiko k'ebyokulonda ketaaga ensimbi okuva mu gavumenti okutegeka okulonda." }, { "english": "We missed the game.", "luganda": "Twasubiddwa omuzannyo." }, { "english": "Do you have the power to perform miracles?", "luganda": "Olina amaanyi okukola eby'amagero?" }, { "english": "We have been threatened by the police.", "luganda": "Tutiisiddwatiisiddwa poliisi." }, { "english": "Do we condemn the police brutality?", "luganda": "Tuvumirira obukambwe bwa poliisi?" }, { "english": "How many political parties are in Uganda?", "luganda": "Ebibiina by'obufuzi biri bimeka mu Uganda?" }, { "english": "What activities are you participating in?", "luganda": "Weetaba mu bikolwa ki?" }, { "english": "Has the electoral commission confirmed the polling date?", "luganda": "Akakiiko k'okulonda kakasizza olunaku lw'okulonda?" }, { "english": "We have democracy in Uganda.", "luganda": "Tulina enkola ya demokulasiya mu Uganda." }, { "english": "He was taken to the police station to make a statement.", "luganda": "Yatwaliddwa ku sitenseni ya poliisi okukola sitatimenti." }, { "english": "The press is covering the election activities.", "luganda": "Amawulire gali mu kukwata ebiri mu kukolebwa mu kulonda." }, { "english": "Do you have access to the internet?", "luganda": "Olina yintanenti?" }, { "english": "What is your conclusion?", "luganda": "Owunzikidde ku ki?" }, { "english": "The electoral commission is nominating presidential candidates.", "luganda": "Akakiiko k'okulonda kali mu kusunsulamu abesimbyewo ku bukulembeze bw'eggwanga." }, { "english": "The pandemic has increased conflicts in families.", "luganda": "Ekirwadde kyongezza obukuubagano mu maka." }, { "english": "Those who have enough items should help the needy.", "luganda": "Abo abalina ebintu ebimala balina okuyambako ku betaavu." }, { "english": "Churches have been opened on strict guidelines.", "luganda": "Ekkanisa zigguddwa ku by'okugobererwa ebikakali ." }, { "english": "They have allowed only seventy people per service.", "luganda": "Bakkiriza abantu nsavu bokka mu buli lusaba." }, { "english": "The cultural leader wants to improve the administration of the community.", "luganda": "Omukulembeze w'ebyobuwangwa ayagala kutumbula bufuzi mu kitundu." }, { "english": "This is a new leadership strategy for the community.", "luganda": "Eno enkola mpya mu bukulembeze bw'ekitundu." }, { "english": "The elders welcomed his proposal during the meeting.", "luganda": "Abakulu bayaniriza ekiteso kye mu lukungaana." }, { "english": "This will balance the representation of all people.", "luganda": "Kino kijja kwenkanyankanya okukiikirirwa kw'abantu bonna." }, { "english": "The community needs new leaders to replace the old.", "luganda": "Ekitundu kyetaaga abakulembeze abapya okudda mu bifo by'abakadde." }, { "english": "New leaders come with new ideas.", "luganda": "Abakulembeze abapya bajja n'ebirowoozo ebipya." }, { "english": "Government has offered support to cultural institutions.", "luganda": "Gavumenti ewadde obuyambi obukulembeze obw'ennono." }, { "english": "The committee agreed on the right method of selecting new leaders.", "luganda": "Akakiiko kakaanyizza ku ngeri entuufu ey'okulondamu abakulembeze abapya." }, { "english": "The leaders shall have assistants to help them fulfil their duties.", "luganda": "Abakulembeze bajja kubeera n'abayambi okubayambako okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe." }, { "english": "Good leadership Will effectively serve people's interests.", "luganda": "Obukulembeze obulungi bujja kuweereza bulungi nnyo ebiruubirirwa by'abantu." }, { "english": "Unity will enable them to manage any challenge.", "luganda": "Obumu bujja kubasobozesa okukwasaganya ebisoomoza byonna." }, { "english": "These leaders must be in a position to handle conflicts properly.", "luganda": "Abakulembeze bano balina okubeera mu mbeera ekwasaganya obulungi obukuubagano ." }, { "english": "Politics shouldn't be mixed with cultural matters.", "luganda": "Obufuzi tebulina kugatibwa na nsonga za bya buwangwa." }, { "english": "Exemplary life is key to leadership.", "luganda": "Obulamu obw'ekyokulabirako kye kisumuluzo ky'obukulembeze." }, { "english": "The voting process must be free and fair to all.", "luganda": "Enkola y'okulonda erina okubeera nga y'amazima na bwenkanya eri bonna." }, { "english": "People should vote for potential leaders.", "luganda": "Abantu balina okulonda abakulembeze abasobola." }, { "english": "A good leader serves without exploitation.", "luganda": "Omukulembeze omulungi aweereza nga tanyuunyuuta." }, { "english": "He invited journalists to address issues to do with the forthcoming election.", "luganda": "Yayita bannamawulire okwogera ku nsonga ezikwata ku kulonda okujja." }, { "english": "Developmental ideas lead to economic growth.", "luganda": "Ebirowoozo ebizimba bireeta enkulaakulana mu by'enfuna." }, { "english": "What is a modern city like?", "luganda": "Ekibuga ekiri ku mulembe kibeera kitya?" }, { "english": "Properly planned cities attract investors.", "luganda": "Ebibuga ebyateekebwateekebwa obulungi bisikiriza bamusiga nsimbi." }, { "english": "How can one run an infant city?", "luganda": "Omuntu ayinza atya okuddukanya ekibuga ekikula?" }, { "english": "Politicians have the power to develop a nation.", "luganda": "Bannabyabufuzi balina amaanyi okukulaakulanya eggwanga." }, { "english": "What qualities are considered for an area to achieve a city status?", "luganda": "Bisaanyizo ki ebigobererwa ekitundu okufuna eddaala ery'ekibuga?" }, { "english": "Where is your belief?", "luganda": "Okukkiriza kwo kuli wa?" }, { "english": "Road networks improve the transport sector.", "luganda": "Enguudo zongera ku mutindo gw'entambula." }, { "english": "Failing in elections means that your rival had more votes than you did have.", "luganda": "Okuggwa mu by'okulonda kitegeeza nti gw'ovuganya naye yalina obululu bungi okukusinga." }, { "english": "Critics should not perturb you.", "luganda": "Abekenneenya tebalina kutawaanya." }, { "english": "Always stand for what is right.", "luganda": "Bulijjo yimiriranga ku kituufu." }, { "english": "The current generation prepares and sets the pace for the forthcoming generations.", "luganda": "Omulembe oguliko kutekateka era ne gutegeka engeri omulembe ogunajja gye gunaatambulamu." }, { "english": "Land must be legally registered in the names of the rightful owner.", "luganda": "Ettaka lirina okuwandiisibwa mu mateeka mu mannya ga nannyini lyo omutuufu." }, { "english": "Some locals are very poor to afford certain services.", "luganda": "Abatuze abamu baavu nnyo okwetusaako empeereza ezimu." }, { "english": "Land surveyors are very expensive.", "luganda": "Abapunta b'ettaka ba bbeeyi nnyo." }, { "english": "Currently most constituencies in Uganda have been divided into two.", "luganda": "Ensangi zino konsitituwensi ezisinga mu Uganda zigabanyiziddwamu bibiri." }, { "english": "How much is the land registration process?", "luganda": "Emitendera gy'okuwandiisa ettaka gya mmeka?" }, { "english": "Surveyors make measurements to determine land boundaries.", "luganda": "Abapunta bakola ebipimo okusalawo ensalosalo z'ettako." }, { "english": "The public should report wrongdoers to authorities.", "luganda": "Abantu balina okuloopa abakozi b'ebikolobero eri ab'obuyinza." }, { "english": "What requirements are needed for a land survey?", "luganda": "Biki eby'etagisa okupunta ettaka?" }, { "english": "Ancestral land is usually inherited.", "luganda": "Ettaka ly'obujjaja bulijjo lya nsikirano." }, { "english": "Land can be sold in exchange for money.", "luganda": "Ettaka lisobola okutundibwa okufunamu ssente." }, { "english": "Landowners register their land to get a land title.", "luganda": "Bannannyini ttaka bawandiisa ettaka lyabwe okufuna ebyapa." }, { "english": "Teachers unions fight for the rights of teachers.", "luganda": "Ebitongole ebigatta abasomesa birwanirira eddembe ly'abasomesa." }, { "english": "Five months without pay is too long.", "luganda": "Emyezi etaano ewatali kusaslwa kiwanvu nnyo." }, { "english": "Operations originate from the headquarters.", "luganda": "Ebikolebwa bisibuka ku kitebe ekikulu." }, { "english": "Different leaders are elected for different duties.", "luganda": "Abakulembeze ab'enjawulo balondebwa olw'obuvunaanyizibwa obw'enjawulo." }, { "english": "Coronavirus has greatly affected the education system of Uganda.", "luganda": "Akawuka ka kolona kakoseza nnyo ebyensoma bya Uganda." }, { "english": "Get something good to learn from every situation.", "luganda": "Funa ekintu ekirungi eky'okuyiga mu buli mbeera." }, { "english": "The future is very uncertain; therefore one needs to plan well.", "luganda": "Ebiseera by'omu maaso tebiteeberezeka; n'olwekyo weetaaga okuteekateeka obulungi." }, { "english": "Hold onto hope in the trying moments.", "luganda": "Beera n'essuubi mu biseera by'okugezesebwa." }, { "english": "In a union people with a common interest come together for a common cause.", "luganda": "Mu kwegatta abantu abalina ebigendererwa ebimu bajja wamu olw'ensonga emu." }, { "english": "What is the role of the teacher's union?", "luganda": "Ekibiina ekigatta abasomesa kya mugaso ki?" }, { "english": "Some things that happen are eye-openers for some people.", "luganda": "Ebintu ebimu ebituukawo bizibula abantu abamu amaaso." }, { "english": "Teachers should join the effort and fight for their profession.", "luganda": "Abasomesa balina okwenyigira mu kaweefube okulwanirira omulimu gwabwe." }, { "english": "Teachers are service providers in the education sector.", "luganda": "Abasomesa baweereza mu kisaawe ky'ebyenjigiriza." }, { "english": "Unions must be of benefit to the members associated with them.", "luganda": "Ebibiina by'obwegassi birina okuba eby'omuganyulo eri abo ababirimu." }, { "english": "Thinking outside the box results into innovation and creativity.", "luganda": "Okulowooza ennyo kuvaamu okutondawo ebintu ebipya n'obuyiiya." }, { "english": "Teachers should make investments elsewhere for an extra source of income.", "luganda": "Abasomesa balina okusiga ensimbi ewalala okufuna ensibuko y'ensimbi endala." }, { "english": "People now have small gardens in their compounds.", "luganda": "Abantu kati balina obulimiro obutono mu mpya zaabwe." }, { "english": "What is the role of National Forest Authority in Uganda?", "luganda": "National Forest Authority erina mulimu ki mu Uganda?" }, { "english": "Why should security be used to intimidate people?", "luganda": "Lwaki abakuumaddembe bakozesebwa okutiisatiisa abantu?" }, { "english": "Agriculture is mostly practised on land.", "luganda": "Obulimi n'obulunzi bisinga kukolebwa ku lukalu." }, { "english": "Educate your children by taking them to school", "luganda": "Somesa abaana bo ng'obatwala ku ssomero" }, { "english": "Food is a basic need for a man.", "luganda": "Emmere kyetaago ky'omuntu mu bulamu obwa bulijjo." }, { "english": "Sometimes the government forcefully takes peoples land.", "luganda": "Emirundi egimu gavumenti etwala ettaka ly'abantu ku mpaka." }, { "english": "The public has a legal right to participate in political matters.", "luganda": "Abantu balina olukusa mu mateeka okwetaba mu nsonga z'ebyobufuzi." }, { "english": "Government gazettes land for forest growing.", "luganda": "Gavumenti ekuuma ettaka okusimbako ebibira." }, { "english": "National Forest Authority reserves forests in Uganda.", "luganda": "National Forestry Authority ekuuma ebibira mu Uganda." }, { "english": "There are lots of challenges faced in preserving forests.", "luganda": "Waliwo ebisomooza bingi ebisangibwa mu ku kuuma ebibira." }, { "english": "Intimidating residents causes insecurity to them.", "luganda": "Okutiisatiisa abatuuze kuleetawo obutali butebenkevu gye bali." }, { "english": "Besides preserving the environment trees are planted for sale.", "luganda": "Ng'ogyeko okukuuma obutonde emiti gisimbibwa okutundibwa." }, { "english": "Increased population leads to competition over the available resources.", "luganda": "Okweyongera kw'abantu kuleetawo okuvuganya ku bintu ebiriwo." }, { "english": "Uganda encourages reservation of forests.", "luganda": "Uganda ekubiriza okukuuma ebibira." }, { "english": "The public should be aware of forest reserve areas.", "luganda": "Abantu balina okumanya ku bitundu by'ebibira." }, { "english": "Locals should not occupy government gazetted land.", "luganda": "Abatuuze tebalina kusenga ku ttaka lya gavumenti erikuumiddwa." }, { "english": "When farmers' products are ready they are harvested.", "luganda": "Ebintu by'abalimi bwe bikula bikungulwa." }, { "english": "Forests help in rain formation.", "luganda": "Ebibira biyamba mu kukola enkuba." }, { "english": "Be peaceful and avoid any kind of violence.", "luganda": "Beera wa ddembe era weewale engeri z'akavuyo zonna." }, { "english": "What conditions have been put in place to fight terrorism?", "luganda": "Bukwakkulizo ki obuteekeddwawo okulwanyisa obutujju?" }, { "english": "Forests have very many benefits.", "luganda": "Ebibira birina emiganyulo mingi." }, { "english": "Settlements are not allowed in reserved areas.", "luganda": "Okusenga tekukkirizibwa mu bifo bikuumibwa." }, { "english": "Advertisement is a way of creating awareness to the public.", "luganda": "Okulanga ngeri y'okumanyisa abantu." }, { "english": "Aim at diversifying your sources of income.", "luganda": "Lubuubirira okugaziya ensibuko z'ennyingiza yo." }, { "english": "The church leaders should encourage people to work.", "luganda": "Abakulembeze b'ekkanisa balina okukubiriza abantu okukola." }, { "english": "Bishops teach people about the things of God.", "luganda": "Abeepisikoopi basomesa abantu ku bintu bya Katonda." }, { "english": "During this season most preachers are preaching via social media platforms.", "luganda": "Mu kaseera kano ababuulirizi abasinga babuulirira okuyita ku mikutu emigattabantu." }, { "english": "Church leaders should support their Christians even outside the church.", "luganda": "Abakulembeze b'ekkanisa balina okukwatirako ku bakulisitaayo baabwe ne wabweru w'ekkanisa." }, { "english": "During the coronavirus season many people have suffered in different ways.", "luganda": "Mu kaseera ky'akawuka ka kolona abantu bangi babonyeebonye mu ngeri ez'enjawulo." }, { "english": "Giving to the needy is one act expected of a Christian.", "luganda": "Okuwa abali mu bwetaavu kmu ku bikolwa ebisuubirwa mu mukulisitaayo." }, { "english": "Churches and mosques were closed to prevent the spread of the coronavirus.", "luganda": "Amakanisa n'emizikiti byaggalwa okutangira okusaasaanya kw'akawuka ka kolona." }, { "english": "Media and social media platforms have greatly helped in spreading the word of God.", "luganda": "Amawulire n'emikutu emigattabantu biyambye nnyo mu kusaasaanya ekigambo kya Katonda." }, { "english": "What is the role of a chief in the subcounty?", "luganda": "Owessaza akola ki mu ggombolola?" }, { "english": "Cultural institutions help people to hold onto cultural norms.", "luganda": "Ebifo by'ennono biyamba abantu okunywerera ku nnono z'obuwangwa." }, { "english": "Meetings must have a venue.", "luganda": "Enkiiko zirina okubeera n'ekifo." }, { "english": "Substantive chiefs are cultural leaders in some communities.", "luganda": "Abaami b'amasaza bakulembeze ba nnono bitundu ebimu." }, { "english": "Clan leaders make decisions on behalf of fellow clan members.", "luganda": "Abakulu b'ebika basalawo ku lw'ab'ebika byabwe." }, { "english": "We need a government that can deliver on its promises.", "luganda": "Twetaaga gavumenti esobola okukola ku bisuubizo byayo." }, { "english": "Chiefs are no longer significant in today's villages.", "luganda": "Abaami tebakyali ba mugaso byalo bya leero." }, { "english": "A consensus is a general agreement.", "luganda": "Enkiriziganya ndagaano ey'awamu." }, { "english": "Some leaders become leaders through an appointment.", "luganda": "Abakulembeze abamu bafuuka bakulembeze nga bayita mu kulondebwa." }, { "english": "All cultures should be recognised at the national level.", "luganda": "Ebyobuwangwa byonna birina okumanyibwa ku mutendera gw'eggwanga." }, { "english": "Even in the midst of development there are challenges faced.", "luganda": "Ne mu masekkati g'enkulaakulana wabeerawo ebisoomooza ebisangibwa." }, { "english": "Culture helps youths to hold onto good morals.", "luganda": "Obuwangwa buyamba abavubuka okunywerera ku mpisa." }, { "english": "Leaders should not be subjective.", "luganda": "Abakulembeze tebalina kuba na kyekubiira." }, { "english": "Leaders should endeavour to unite all people.", "luganda": "Abakulembeze balina okufuba okugatta abantu bonna." }, { "english": "Through elections we either vote good or bad people into a position of power.", "luganda": "Okuyita mu kulonda tulonda abantu abalungi oba ababi mu bifo by'obuyinza." }, { "english": "Vote genuine leaders that are ready to work and improve services.", "luganda": "Londa abakulembeze abeesimbu abeetegefu okukola n'okutumbula obuweereza." }, { "english": "Leadership is God-given.", "luganda": "Obukulembeze buva eri Katonda." }, { "english": "The president addressed the media on issues regarding the lockdown.", "luganda": "Pulezidenti yayogeddeko eri bannamawulire ku nsonga z'omuggalo." }, { "english": "Potential leaders should be visionary and developmental.", "luganda": "Abakulembeze ab'enkizo balina okuba nga balengerera wala era nga bankulaakulana." }, { "english": "What makes a city modern?", "luganda": "Ki ekifuula ekibuga eky'omulembe?" }, { "english": "Slums are common in poorly planned cities.", "luganda": "Omugotteko mungi mu bibuga ebyateekebwateekebwa obubi." }, { "english": "What makes you best suited for that job?", "luganda": "Ki ekikufuula asinga okusaanira omulimu ogwo?" }, { "english": "Good leadership has to aim at development.", "luganda": "Obukulembeze obulungi bulina okuluubirira enkulaakulana." }, { "english": "Why are some districts not ready for city status?", "luganda": "Lwaki disitulikiti ezimu tezinnatuuka ku ssa lya kibuga?" }, { "english": "Cities are planned for.", "luganda": "Ebibuga biteekerwateekerwa." }, { "english": "A developed transport system contributes to economic development.", "luganda": "Ebyentabula ebiri ku mutindo byongera ku by'enfuna." }, { "english": "Leaders change leadership positions over time.", "luganda": "Abakulembeze bakyusa ebifo by'obukulembeze nga wayise ekiseera." }, { "english": "As a leader you ought to be focused.", "luganda": "Ng'omukulembeze osuubirwa okufaayo." }, { "english": "People should always do what is appropriate.", "luganda": "Abantu balina okukola ebyo ebisaanidde." }, { "english": "We should always focus on the future.", "luganda": "Bulijjo tulina okufaayo ku biseera by'omu maaso." }, { "english": "The district should know all its residents.", "luganda": "Disitulikiti erina okumanya abatuuze baayo bonna." }, { "english": "People are required to pay a reasonable amount of money which they cannot afford.", "luganda": "Abantu balina okusasula omuwendo gwa ssente ogwegasa gwe batasobola." }, { "english": "The parliamentarian will clear the costs on behalf of the people.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti ajja kusasula ku lw'abantu." }, { "english": "The parliamentarian wants another term in parliament.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti ayagala ekisanja ekirala mu paalamenti." }, { "english": "People do not have the income to facilitate the registration process.", "luganda": "Abantu tebalina za kwewandiisa." }, { "english": "The district should reduce registration expenses.", "luganda": "Disitulikiti erina okukendeeza ku ssente z'okwewandiisa." }, { "english": "People should be aware of thieves.", "luganda": "Abantu balina okubeera bulindaala olw'ababbi." }, { "english": "The district should establish a program whereby a resident only pays once.", "luganda": "Disitulikiti erina okussaawo enkola ng'omutuuze asasula lumu." }, { "english": "The member of parliament has helped people to protect their land.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti ayambye abantu okukuuma ettaka lyabwe." }, { "english": "The member of parliament made sure that people do not sell their land.", "luganda": "Omubaka wa paalameni yafubye okulaba abanu tebatunda ttaka lyabwe." }, { "english": "The parliamentarian has sensitized people to engage in agricultural activities.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti akubirizza abantu okwenyigira mu bulimi." }, { "english": "The parliamentarian will lobby for funds and establish income-generating activities.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti ajja kusaka ensimbi atondewo emirimu egivaamu ensimbi." }, { "english": "He was clear about his objectives when he joined the National Resistance Movement.", "luganda": "Yali mulambulukufu mu bigendererwa bye we yeegattira ku National Resisitance Movement." }, { "english": "He wants to improve people's lifestyle.", "luganda": "Ayagala kulongoosa mbeera y'obulamu bw'abantu." }, { "english": "Every decision he makes is in the interest of his own people.", "luganda": "Buli kusalawo kw'akola kubeera mu kwagala kw'abantu be." }, { "english": "People should work with the ruling party instead of opposing it.", "luganda": "Abantu balina okukola n'ekibiina ekiri mu buyinza mu kifo ky'okukivuganya." }, { "english": "He is confident that he will still represent the people of Ayivu west in parliament.", "luganda": "Muvumu nti ajja kusigala ng'akiikirira abantu b'e Ayivu west mu paalamenti." }, { "english": "He wanted the people to be part of the country's socio-economic transformation.", "luganda": "Yayagala abantu babeere kitundu ku nkulaakulana y'eggwanga mu byenfuna." }, { "english": "He was hopeful that the people of Arua would attain socio-economic transformation.", "luganda": "Yalina essuubi nti abantu ba Arua bajja kufkulaakulana mu byenfuna." }, { "english": "He needed to support the ruling party for the people of West Nile to benefit.", "luganda": "Yayaggala okuwagira ekibiina ekiri mu buyinza abantu ba West Nile baganyulwe." }, { "english": "The parliamentarian was exemplary to other leaders.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti yali kyakulabirako eri abakulembeze abalala." }, { "english": "The parliamentarian joined politics life at a young age.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti yayingira ebyobufuzi ku myaka emito." }, { "english": "He got the experience which gave him the confidence to contest for the parliamentary seat.", "luganda": "Yafuna obumanyirivu ekyamuwa obuvumu okuvuganya ku kifo ky'omubaka wa paalamenti." }, { "english": "The army is used to intimidate the opposition leaders.", "luganda": "Amagye gakozesebwa okutiisatiisa abakulembeze b'oludda oluvuganya gavumenti." }, { "english": "The army wants opposition leaders to be aligned to the ruling party.", "luganda": "Amagye gaagala abakulembeze b'oludda oluvuganya gavumenti bakwatagane n'ekibiina ekiri mu buyinza." }, { "english": "The army is playing political cards against opposition leaders.", "luganda": "Amagye gazannya mpiki z'ebyobufuzi ku bakulembeze b'oludda oluvuganya gavumenti." }, { "english": "The army has started laying strategies to influence the coming elections.", "luganda": "Amagye gatandise okukola enteekateeka z'okulonda okujja." }, { "english": "The army will be used to help the ruling party win the elections.", "luganda": "Amagye gajja kukozesebwa okuyamba ekibiina ekiri mu buyinza okuwangula akalulu." }, { "english": "The commander explained that the army is non-partisan and the accusations are baseless.", "luganda": "Omudduumizi yannyonyodde nti amagye tegegalina kyekubiira era ebiriwo tebirina kwe byesigamizibwa." }, { "english": "The commander explained that the army is concerned about peace and order.", "luganda": "Omudduumizi yannyonyodde nti amagye gafaayo ku mirembe n'obutebenkevu." }, { "english": "The incumbent is worried about the increasing number of officers in the area.", "luganda": "Omukulembeze aliko mweraliikirivu ku muwendo gw'abasirikale ogweyongera mu kitundu" }, { "english": "The army should not get involved in politics and politicking.", "luganda": "Amagye tegalina kwetaba mu byabufuzi n'okukola ebintu byonna ebyekuusa ku byobufuzi." }, { "english": "He informed people to be alert about the current situation in West Nile.", "luganda": "Yategeeza abantu okubeera obulindaala ku mbeera eri mu West Nile." }, { "english": "Innovations in Arua have simplified business activities.", "luganda": "Obuyiiya mu Arua bugonzezza emirimu gy'obusuubuzi." }, { "english": "People can access goods and services very fast.", "luganda": "Abantu basobola okufuna ebyamaguzi n'obuweereza mu bwangu nnyo." }, { "english": "The technology links and connects people to different businesses.", "luganda": "Tekinologiya ayunga n'okugattta abantu ku bizinensi ez'enjawulo." }, { "english": "People will have an improved transport network.", "luganda": "Abantu bajja kuba n'entambula ennongooseemu." }, { "english": "It will create good relationships among people in the transport business.", "luganda": "Kijja kutondawo enkolagana ennungi mu bantu abali mu bizinesi y'ebyentambula." }, { "english": "The technology will provide security for the boda-boda men.", "luganda": "Tekinologiya ajja kuwa aba booda booda obukuumi." }, { "english": "The technology establishes the order in the transport network.", "luganda": "Tekinologiya ateekawo ebigobererwa mu byentambula." }, { "english": "It is cost-effective and saving.", "luganda": "Si kya buseere era kikekkereza." }, { "english": "The platform has brought bodaboda men to work together and improve their welfare.", "luganda": "Omukutu gugasse aba boodabooda okukolera awamu n'okutumbula embeera z'obulamu bwawe." }, { "english": "The platform has improved the relationship between the riders and with their customers.", "luganda": "Omukutu gwongedde enkolagana wakati wakati w'abavuzi n'abasaabaze baabwe." }, { "english": "The platform will encourage more people into the transport business.", "luganda": "Omukutu gujja kusikiriza abantu abalala mu bizinensi y'ebyentambula." }, { "english": "He informed the riders to observe traffic laws.", "luganda": "Yategeeza abavuzi okugoberera amateeka g'oku nguudo." }, { "english": "More people are joining the political atmosphere in the country.", "luganda": "Abantu bangi bayingira ebyobufuzi mu ggwanga." }, { "english": "They want to serve the people.", "luganda": "Baagala kuweereza bantu." }, { "english": "The candidate wants to represent the ruling party in Arua.", "luganda": "Eyeesimbyewo ayagala kukiikirira kibiina ekiri mu buyinza mu Arua." }, { "english": "He informed the people of Arua about his manifesto.", "luganda": "Yategeeza abantu ba Arua ku manifesito ye." }, { "english": "He told people his family background.", "luganda": "Yagamba abantu amaka mw'ava." }, { "english": "He explained his education life and the skills and knowledge attained from school.", "luganda": "Yannyonyola okusoma kwe obukugu n'amagezi ge yafuna mu ssomero." }, { "english": "He is well educated with several degrees.", "luganda": "Muyigirize bulungi ne diguli eziwera." }, { "english": "He has a working experience of seventeen years.", "luganda": "Alina obumanyirivu bw'okukola bwa myaka kkumi na musanvu." }, { "english": "He has worked with different organisations and government agencies.", "luganda": "Akoze n'ebitongole eby'enjawulo n'ebitongole bya gavumenti." }, { "english": "He also has a passion for the rotary club.", "luganda": "Alina n'obwagazi bw'ekibiina kya lotale." }, { "english": "He has a passion for the sport.", "luganda": "Ayina obwagazi bw'omuzannyo." }, { "english": "He also engages in business activities.", "luganda": "Yeenyigira ne mu byobusuubuzi." }, { "english": "He wants to improve on the people's way of life.", "luganda": "Ayagala kulongoosa ku ngeri abantu gye bawangaalamu." }, { "english": "He wants to establish good governance in the area.", "luganda": "Ayagala kussaawo obukulembeze." }, { "english": "He wants to respond to the existing problems faced by the people.", "luganda": "Ayagala kwanukula ku bizibu ebiriwo abantu bye basanga." }, { "english": "He emphasizes good representation and leadership for the people.", "luganda": "Akkaatiriza obukiise n'obukulembeze bw'abantu obulungi." }, { "english": "He wants to work for the people their views and their interests.", "luganda": "Ayagala kukolera bantuebiteeso byabwe ne bye baagala." }, { "english": "He wants to understand people's problems by reaching out to them.", "luganda": "Ayagala kutegeera bizibu by'abantu ng'abatuukirira." }, { "english": "He intends to ensure proper allocation and distribution of the country's resources.", "luganda": "Agenderera kukakasa nti eby'obugagga by'eggwanga bisaasaanyizibwa n'okubigabanya obulungi." }, { "english": "He intends to bring people together and have a common goal in society.", "luganda": "Agenderera okugatta abantu awamu era babeere n'ekiruubirirwa ekyawamu mu kitundu." }, { "english": "There shall be an equal distribution of resources in the district.", "luganda": "Wajja kubaawo obw'enkanya mu kugabanya eby'obugagga mu disitulikiti." }, { "english": "People should be involved in decision-making processes.", "luganda": "Abantu balina okwetabizibwa mu kukola okusalawo." }, { "english": "He will introduce cooperative unions.", "luganda": "Ajja kutandikawo ebibiina by'obwegassi." }, { "english": "He will represent the interests of all his people.", "luganda": "Ajja kukiikirira ebirowoozo by'abantu be bonna." }, { "english": "All people must be respected because they were created in God's image.", "luganda": "Abantu bonna balina okuweebwa ekitiibwa kubanga baatondebwa mu kifaananyi kya Katonda." }, { "english": "He intends to lobby funds from the government through youth livelihood programs.", "luganda": "Agenderera okusaka obuyambi okuva mu gavumenti ng'ayita mu nteekateeka z'abavubuka." }, { "english": "He intends to advocate for an increase in the equalisation grants.", "luganda": "Agenderera okulwanirira okwongera obwenkanya mu ngabanya ya ssente." }, { "english": "People should understand the importance of land in rural transformation.", "luganda": "Abantu balina okutegeera omugaso gw'ettaka mu nkulaakulanya y'ebyalo." }, { "english": "He informed people to register their land to avoid land grabbing.", "luganda": "Yategeeza abantu okuwandiisa ettaka lyabwe okwewala kibbattaka." }, { "english": "He intends to ensure infrastructural development.", "luganda": "Agenderera kufa ku bintu ebigasiza abantu awamu." }, { "english": "People should behave during campaigns.", "luganda": "Abantu balina okweyisa obulungi mu biseera by'okunoonya obululu.." }, { "english": "He informed people that he is an advocate of stability social order and unity.", "luganda": "Yategeeza abantu nti mulwanirizi wa butebenkevu eddembe n'obumu." }, { "english": "He respects competitors because they play a good role in changing society.", "luganda": "Assa ekitiibwa mu bavuganya kubanga bakola omulimu munene mu kukyusa ekitundu." }, { "english": "He wants people to work together before during and after elections.", "luganda": "Ayagala abantu bakolere wamu mu kiseera ng'okulonda tekunnaba mu kuloda n'oluvannyuma lw'okulonda." }, { "english": "Politics should not divide people but rather should unite and bring them together.", "luganda": "Ebyobufuzi tebirina kwawula mu bantu naye birina okubagatta n'okubaleeta awamu." }, { "english": "He wishes his strongest competitor good health.", "luganda": "Ayagaliza amuvuganya ennyo obulamu obulungi." }, { "english": "He wants to oust him without any excuses.", "luganda": "Ayagala okumuggyako awatali kwewozaako kwonna." }, { "english": "People need a change of leadership in Arua city.", "luganda": "Abantu beetaga okukyuka kw'obukulembeze mu kibuga kya Arua." }, { "english": "He wants to boost business activities in Arua.", "luganda": "Ayagala okutumbula ebyobusuubuzi mu Arua." }, { "english": "People in Arua are having poor standards of living.", "luganda": "Abantu mu Arua babeera mu mbeera embi." }, { "english": "The district officials have failed to properly and effectively plan for the people.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti balemereddwa okuteekerateekera obulungi abantu era mu bwangu." }, { "english": "He will provide capital so that people get involved in business activities.", "luganda": "Ajja kuwa entandikwa abantu basobole okwenyigira mu byobusuubuzi." }, { "english": "He explains that it is time for young people to lead.", "luganda": "Annyonyola nti ke kaseera abavubuka abato bakulembere." }, { "english": "He will ensure and encourage electricity distribution and transmission.", "luganda": "Ajja kufa ku ngabanya n'embunyisa y'amasannyalaze." }, { "english": "He is result-oriented.", "luganda": "Afa ku buwanguzi." }, { "english": "He ensured that people have access to better services.", "luganda": "Yafuba okulaba nga abantu bafuna obuweereza obusingako." }, { "english": "He has grown up from Arua and understands people's problems.", "luganda": "Akulidde mu Arua era ategeera ebizibu by'abantu." }, { "english": "He is an educated and a family man.", "luganda": "Musajja muyivu era wa maka." }, { "english": "The district should ensure that the ambulances serve their rightful purpose.", "luganda": "Disitulikiti erina okukakasa nti emmotoka ezitambuza abalwadde zikola omulimu gwazo omutuufu." }, { "english": "The district should recruit drivers who are ethical and have maximum integrity.", "luganda": "Disitulikiti erina okuleeta abavuzi abalina empisa era abeesimbu." }, { "english": "People are using ambulances to support their personal activities.", "luganda": "Abantu bakozesa emmotoka ezitambuza abalwadde okukola emirimu gyabwe." }, { "english": "The district officials sometimes use these ambulances to smuggle goods into the country.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti ebiseera ebimu bakozesa emmotoka ezitambuza abalwadde okukukusa ebyamaguzi mu ggwanga." }, { "english": "The district is faced with misallocation and misappropriation of funds.", "luganda": "Disitulikiti essanga obuzibu bw'okukozesa obubi ensimbi n'okuzibulankanya." }, { "english": "Drivers should drive patients carefully.", "luganda": "Abavuzi balina okuvuga abalwadde n'obwegendereza." }, { "english": "All movements by ambulances are monitored.", "luganda": "Entabula z'emmotoka zonna ezitambuza abalwadde zirondoolwa." }, { "english": "All complaints regarding ambulance services should be forwarded to the district officials.", "luganda": "Okwemulugunya kwonna okukwata ku mpereza z'emmotoka ezitambuza abalwadde zirina kutwalibwa eri abakulu ba disitulikiti." }, { "english": "They decided to carry out further investigations.", "luganda": "Baasalawo okweyongerayo n'okunoonyereza." }, { "english": "Ambulance drivers are being addressed on service delivery.", "luganda": "Abavuzi b'emmotoka ezitambuza abalwadde basomesebwa ku buweereza." }, { "english": "More funding should be directed to fueling ambulances.", "luganda": "Ensimbi zongerwe mu mafuta g'emmotoka ezitambuza abalwadde." }, { "english": "More emergency health centres have been put up.", "luganda": "Amalwaliro g'abayi amalala gateekeddwawo." }, { "english": "Border districts are being developed.", "luganda": "Disitulikiti ez'okunsalo ziri mu kukulaakulanyizibwa ." }, { "english": "Family land should not be divided as districts are being formed.", "luganda": "Ettaka ly'ekika teririna kugabanyizibwamu nga disitulikiti zigenda zitondwawo." }, { "english": "Border districts have developed a lot since the year started.", "luganda": "Disitulikiti z'okunsalo zi kulaakulanye nnyo nnyo okuva omwaka lwe gwatandika." }, { "english": "Refugees in each district should be counted.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu mu buli disitulikiti balina okubalibwa." }, { "english": "They recorded the total number of refugees.", "luganda": "Baawandiika omugatte gw'abanoonyiboobubudamu" }, { "english": "Refugees in different districts should be united.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu mu disitulikiti ez'enjawulo balina okubeera obumu.." }, { "english": "A lot is being done to improve the welfare of refugees.", "luganda": "Bingi biri mu kukolebwa okutumbula embeera y'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "The community should be involved in district demarcation.", "luganda": "Abantu b'ekitundu balina okubeeramu mu kukola ensalo za disitulikiti." }, { "english": "A survey on settlements at border districts is being held.", "luganda": "Okwekebeja ku busenze ku disitulikiti z'okunsalo kukolebwa." }, { "english": "Some border districts are at war.", "luganda": "Disitulikiti z'okunsalo ezimu ziri mu ntalo." }, { "english": "It is alleged that the ambulances were donated by the government.", "luganda": "Kiteeberezebwa nti emmotoka ezitambuza abalwadde zatonebwa gavumenti." }, { "english": "They realized that the ambulances were donated by an individual.", "luganda": "Bakizuula nti emmotoka ezitambuza abalwadde zaatonebwa muntu." }, { "english": "The speaker acknowledged receipt of the ambulances.", "luganda": "Omw'ogezi yakakasizza nti yafuna emmotoka ezitambuza abalwadde." }, { "english": "More funds are being raised to purchase ambulances.", "luganda": "Ensimbi endala ziri mu kukungaanyizibwa kugula mmotoka zitambuza balwadde." }, { "english": "She donated some of the ambulances.", "luganda": "Yatona ezimu ku mmotoka ezitambuza abalwadde." }, { "english": "There was a general assembly today.", "luganda": "Wabaddewo olukungaana lwa bonna olwaleero." }, { "english": "The ambulances have been a great contribution to the health sector.", "luganda": "Emmotoka ezitambuza abalwadde zikoze nnyo ku by'obulamu." }, { "english": "She exposed the documents about the ambulances.", "luganda": "Yayolesa ebiwandiiko ebikwata ku mmotoka ezitambuza abalwadde." }, { "english": "More beds were purchased for the hospital.", "luganda": "Eddwaliro baaligulira ebitanda ebirala." }, { "english": "The rate of maternal mortality is increasing.", "luganda": "Omuwendo gw'abakyala b'embuto abafa nga bali mbuto nga bazaala oba nga baakamala okuzaala kweyongera." }, { "english": "Many schoolgirls are defiled monthly.", "luganda": "Abawala bangi ab'essomero basobezebwako buli mwezi." }, { "english": "Defilement leads to forced marriages.", "luganda": "Okusobya ku baana kuleeta obufumbo obukake." }, { "english": "The girl child should be protected against sexual abuse.", "luganda": "Omwana omuwala ateekeddwa okukuumibwa okwewala okukabasanyizibwa." }, { "english": "Rapists ought to be arrested.", "luganda": "Ba muliisamaanyi basaana kusibibwa." }, { "english": "Woman emancipation is everyone's responsibility.", "luganda": "Omwenkanonkano buvunaanyizibwa bwa buli omu." }, { "english": "The gender gap is still big.", "luganda": "Enjawulo mu kikula ky'obutonde ekyali nnene." }, { "english": "Girl empowerment projects are ongoing.", "luganda": "Pulojekiti ezitumbula abawala zigenda mu maaso." }, { "english": "The ongoing projects are really inclusive.", "luganda": "Pulojekiti ezigenda mu maaso nazo mweziri." }, { "english": "The number of rape cases is increasing rapidly.", "luganda": "Emiwendo gy'emisango egy'obuliisamaanyi gyeyongera nnyo." }, { "english": "All rape cases should be reported.", "luganda": "Emisango gy'obuliisamaanyi girina okuloopebwa." }, { "english": "The police should ensure justice for the defiled.", "luganda": "Poliisi erina okukakasa obwenkanya eri abasobezeddwako." }, { "english": "Northern Uganda has been developed.", "luganda": "Obukiika kkono bwa Uganda bukulaakulanyiziddwa." }, { "english": "The king addressed his kingdom.", "luganda": "Kabaka yayogera eri obwakabaka." }, { "english": "All newly elected leaders were congratulated.", "luganda": "Abakulembeze bonna abagya abalondebwa bayozayozeddwa." }, { "english": "Both kingdoms and chiefdoms still exist.", "luganda": "Obwakabaka n'obwami bukyaliwo." }, { "english": "He said that our diversity should unite us.", "luganda": "Yagamba nti enjawukana zaffe ze zirina okutugatta." }, { "english": "Different cultural leaders should unite for development.", "luganda": "Abakulu b'ebyobuwangwa eb'enjawulo balina okwegatta ku lw'enkulaakulana." }, { "english": "The West Nile region comprises various tribes.", "luganda": "Ekitundu ky'ebugwanjuba ekya Nile kikolebwa amawanga mangi." }, { "english": "The people from the West Nile have several cultural activities.", "luganda": "Abantu abava mu buggwanjuba bwa Nile balina emirimu gy'ebyobuwangwa mingi." }, { "english": "Cultural activities should be respected.", "luganda": "Emirimu gy'ebyobuwangwa girina okussibwamu ekitiibwa." }, { "english": "Arua was declared a city.", "luganda": "Arua yalangirirwa ng'ekibuga." }, { "english": "Arua city has new leadership.", "luganda": "Ekibuga ky'Arua kirina obukulembeze obuggya." }, { "english": "We should learn about the history of our cultures.", "luganda": "Tuyina okuyiga ku byafaayo by'obuwangwa bwaffe." }, { "english": "Different tribes have different cultures.", "luganda": "Amawanga ag'enjawulo galina eby'obuwangwa bya njawulo." }, { "english": "Some cultures are common among several tribes.", "luganda": "Eby'obuwangwa ebimu bye bimu mu mawanga ag'enjawulo." }, { "english": "Children usually inherit their parents' property.", "luganda": "Abaana bulijjo basikira ebintu by'abazadde baabwe." }, { "english": "The West Nile region is very peaceful.", "luganda": "Ekitundu kya buggwanjuba bwa Nile kya mirembe nnyo." }, { "english": "A city building caught fire last night.", "luganda": "Ekizimbe ky'ekibuga kyakwata omuliro ekiro kya jjo.." }, { "english": "The police are still investigating the cause of the fire.", "luganda": "Poliisi ekyanoonyereza ekyavuddeko omuliro." }, { "english": "No one died in the burnt building.", "luganda": "Tewali n'omu yafiiridde mu kizimbe ekyayokeddwa." }, { "english": "The guests managed to run out of the building as it burnt down.", "luganda": "Abagenyi baasobola okudduka okuva mu kizimbe nga kikutte omuliro." }, { "english": "The police put out the fire.", "luganda": "Poliisi yazikiza omuliro." }, { "english": "People had tried their best to extinguish the fire but didn't succeed.", "luganda": "Abantu baagezako kye basobola okuzikiza omuliro naye tebamalako." }, { "english": "All the furniture in the building burnt down.", "luganda": "Ebibajje byonna mu kizimbe byaggya." }, { "english": "The whole building perished due to the fire.", "luganda": "Ekizimbe kyonna kya ggwawo olw'omuliro." }, { "english": "The people who were in the building were not injured.", "luganda": "Abantu abali mu kizimbe tebaalumizibwa." }, { "english": "The fire spread out so fast throughout the building.", "luganda": "Omuliro gwasaasaana mangu nnyo mu kizimbe kyonna." }, { "english": "No one believes the building actually got burnt.", "luganda": "Tewali n'omu akkiriza ddala nti ekizimbe kyaggya." }, { "english": "News reporters arrived while the building was still on fire.", "luganda": "Abasasi b'amawulire batuuka ng'ekizimbe kikyayaka." }, { "english": "So many documents were burnt in the building.", "luganda": "Ebiwandiiko bingi nnyo byayokyeddwa mu kizimbe." }, { "english": "People must wear masks even while in vehicles.", "luganda": "Abantu balina okwambala obukookolo ne bwe baba mu bidduka." }, { "english": "Public transport is now open.", "luganda": "Entambula y'olukale kati nzigule." }, { "english": "The public is well informed about the lifting of the lockdown.", "luganda": "Eky'okugyawo omuggalo abantu bakimanyi bulungi." }, { "english": "The spread of coronavirus disease has been low this week.", "luganda": "Ensaasaanya y'akawuka ka ssenyigga omukambwe ebadde ntono mu ssabbiiti eno." }, { "english": "Border districts are still under lockdown.", "luganda": "Disitulikiti z'okunsalo zikyali ku muggalo." }, { "english": "We are advised to observe the standard operating procedures.", "luganda": "Tukubirizibwa okugoberera amateeka n'ebiragiro bye baateekawo okutangira Corona." }, { "english": "The lockdown was only lifted on public transport according to today's address.", "luganda": "Omuggalo gwagiddwawo ku ntambula z'olukale zokka okusinziira ku kwogera kwa leero." }, { "english": "He emphasized that social distancing should be observed.", "luganda": "Yakkaatirizza nti okwewa amabanga kulina okuteekebwa mu nkola." }, { "english": "Anyone who doesn't wear a mask risks contacting coronavirus disease.", "luganda": "Omuntu yenna atayambala kakookolo ali mu katyabaga k'okukwatibwa akawuka ka kolona." }, { "english": "Many people have now adopted to mask-wearing.", "luganda": "Abantu bangi kati betanidde nnyo okwambala obukookolo." }, { "english": "New coronavirus disease cases were registered today.", "luganda": "Abalwadde b'akawuka ka kolona abapya bazuuliddwa leero." }, { "english": "Taxi drivers work under a certain organization.", "luganda": "Abavuzi ba taxi bakolera wansi w'ekitongole ekimu." }, { "english": "More coronavirus disease cases were revealed today.", "luganda": "Abalwadde b'akawuka ka kolona abalala balangiddwa leero." }, { "english": "Mosquito nets were distributed to reduce the spread of malaria.", "luganda": "Obutimba bw'ensiri bwagabiddwa okukendeeza ku kusaasaanya kw'omusujja." }, { "english": "The mosquito nets are planned to be distributed all over the country.", "luganda": "Obutimba bw'ensiri butegekebwa kugabibwa mu ggwanga lyonna." }, { "english": "Malaria is on the rise.", "luganda": "Omusujja gw'ensiri guli mu kweyongera." }, { "english": "Eastern Uganda will receive the mosquito nets this month.", "luganda": "Ab'ebuvanjuba bwa Uganda bajja kufuna obutimba bw'ensiri leero." }, { "english": "The mosquito nets were delivered at my doorstep.", "luganda": "Obutimba bw'ensiri bwaletebwa ku mulyango gwange." }, { "english": "The mosquito nets were given out for two months.", "luganda": "Obutimba bw'ensiri bwagabibwa okumala emyezi ebiri." }, { "english": "Refugees were also given mosquito nets.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu nabo baweebwa obutimba bw'ensiri." }, { "english": "People are advised to sleep under mosquito nets.", "luganda": "Abantu bakubirizibwa okwebaka mu butimba bw'ensiri." }, { "english": "Sleeping under a mosquito net prevents malaria.", "luganda": "Okusula mu katimba k'ensiri kitangira omusujja gw'ensiri." }, { "english": "Malaria is a curable disease.", "luganda": "Omusujja gw'ensiri kirwadde ekiwona." }, { "english": "Malaria was very common last year.", "luganda": "Omusajja gw'ensiri gwali mungi nnyo omwaka oguwedde." }, { "english": "People may die of malaria if they are not careful.", "luganda": "Abantu bandi fa omusujja gw'ensiri singa tebegendereza." }, { "english": "People requested for food relief from the government.", "luganda": "Abantu baasaba obuyambi bw'emmere okuva mu gavumenti." }, { "english": "The contacts of the patients were left to go.", "luganda": "Abantu b'abalwadde baalekebwa ne bagenda." }, { "english": "People are working tirelessly to fight coronavirus disease.", "luganda": "Abantu bakola butaweera okulwanyisa ekirwadde ky'akawuka ka kolona." }, { "english": "Many people lack food due to the lockdown.", "luganda": "Abantu bangi tebalina mmere olw'omuggalo." }, { "english": "We received some food relief.", "luganda": "Twafunayo ku buyambi bw'emmere." }, { "english": "Some districts didn't receive any food relief.", "luganda": "Disitulikiti ezimu tezafuna buyambi bwa mmere bwonna." }, { "english": "The elections were delayed.", "luganda": "Okulonda kwalwisibwawo." }, { "english": "Coronavirus patients are tired of being hospitalized.", "luganda": "Abalwadde b'akawuka ka kolona bakooye okubeera mu ddwaliro." }, { "english": "The electoral commission is responsible for organising elections at every level", "luganda": "Akakiiko k'ebyokulonda kavunaanyizibwa okutegeka okulonda ku buli ddaala." }, { "english": "Political parties train their candidates on the kind of message to spread to the public.", "luganda": "Ebibiina byobufuzi bitendeka abeesimbyewo ku bubaka ki bwe balina okusaasaanya eri abantu." }, { "english": "Political party members will elect their leaders.", "luganda": "Bannabibiina byobufuzi bajja kulonda abakulembeze baabwe." }, { "english": "It's the police's responsibility to protect Ugandans.", "luganda": "Buvunaanyizibwa bwa poliisi okukuuma bannayuganda." }, { "english": "People are to follow orders from the police.", "luganda": "Abantu balina okugoberera ebiragiro okuva eri poliisi." }, { "english": "People tend not to follow instructions.", "luganda": "Abantu bagenderera obutagoberera biragiro." }, { "english": "The police can try to resolve conflicts between the husband and the wife.", "luganda": "Poliisi esobola okugezaako okugonjoola obutakkaanya wakati w'omwami n'omukyala." }, { "english": "No one is above the law.", "luganda": "Tewali n'omu ali waggulu w'amateeka." }, { "english": "There are conflicts among religious leaders.", "luganda": "Waliwo obutakkaanya mu bakulembeze b'amaddiini." }, { "english": "Religious leaders should love each other.", "luganda": "Abakulembeze b'amaddiini balina okwagalana." }, { "english": "People sometimes take matters in their own hands.", "luganda": "Abantu ebiseera ebisinga ensonga bazitwalira mu ngalo ." }, { "english": "Not everyone who likes you cares about you.", "luganda": "Si buli akwagala nti akufaako." }, { "english": "People don't always care.", "luganda": "Abantu tebatera kufaayo." }, { "english": "It is good to make friends.", "luganda": "Kirungi okukola emikwano." }, { "english": "In everything you do accountability is required", "luganda": "Mu buli kintu kyonna ky'okola embalirira yetaagisa" }, { "english": "Reporting a case to the police does not make you a criminal", "luganda": "Okuwaaba omusango ku poliisi tekikufuula muzzi wa misango." }, { "english": "It is only during bad times when people tend to care.", "luganda": "Abantu batera okufaayo mu biseera ebibi byokka." }, { "english": "It is only during bad times when you see people you like you", "luganda": "Mu biseera ebibi byokka mw'olabira abantu abakwagala." }, { "english": "It is a good practice to help family members.", "luganda": "Kikolwa kirungi okuyamba eb'ekika." }, { "english": "It is good practice to help friends.", "luganda": "Kikolwa kirungi okuyamba emikwano." }, { "english": "You should always appreciate the little that someone has done for you", "luganda": "Bulijjo olina okusiima akatono omuntu kaaba akukoledde" }, { "english": "Saying thank you takes nothing from you.", "luganda": "Okugamba nti weebale tekirina kye kikugyako." }, { "english": "Saying thank you to someone shows that you appreciate their contribution.", "luganda": "Okugamba omuntu nti weebale kiraga nti osiimye bya kukoledde." }, { "english": "It is very hard to be homeless if you have people who still care about you", "luganda": "Kizibu nnyo okubulwa w'osula bwoba okyayina abantu abakufaako." }, { "english": "It's a good practice to help those in need.", "luganda": "Kikolwa kirungi okuyamba abo abali mu bwetaavu." }, { "english": "Good hygiene can prevent the spread of most diseases", "luganda": "Obuyonjo busobola okutangira ensaasaanya y'endwadde ezisinga" }, { "english": "Overcrowded places increase on the spread of diseases", "luganda": "Ebifo eby'akanyigo byongeza ku kusaasaana kw'endwadde" }, { "english": "The government has failed to help pregnant mothers.", "luganda": "Gavumenti eremereddwa okuyamba ba maama abali embuto." }, { "english": "It's the government's responsibility to treat its people from various diseases.", "luganda": "Buvunaanyizibwa bwa gavumenti okujjanjaba abantu baayo ebirwadde eby'enjawulo." }, { "english": "Hand washing can prevent the spread of certain diseases", "luganda": "Okunaaba engalo kusobola okutangira okusaasaana kw'endwadde ezimu" }, { "english": "It's the government's responsibility to teach its people about various diseases", "luganda": "Buvunaanyizibwa bwa gavumenti okusomesa abantu baayo ku bulwadde obw'enjawulo" }, { "english": "The number of refugees in Uganda is increasing", "luganda": "Omuwendo gw'abanoonyiboobubudamu mu Uganda gweyongera" }, { "english": "We need to stop the spread of diseases in crowded areas.", "luganda": "Twetaaga okukomya okusaasaanya endwadde mu bifo ebirimu abantu abangi." }, { "english": "There is an easy spread of diseases in crowded areas.", "luganda": "Waliwo obwangu mu kusaasaana kw'endwadde mu bifo ebirimu abantu abangi." }, { "english": "The government has not taught people about the various diseases", "luganda": "Gavumenti tesomeseezza bantu ku ndwadde ez'enjawulo." }, { "english": "You can use any kind of soap to wash your hands.", "luganda": "Osobola okukozesa ekika kya ssabbuuni kyonna okunaaba mu ngalo." }, { "english": "Children should be taught about disease prevention.", "luganda": "Abaana balina okusomesebwa ku kwetangira endwadde." }, { "english": "The government has stepped up to help the refugees in the country", "luganda": "Gavumenti evuddeyo okuyamba abanoonyiboobubudamu mu ggwanga." }, { "english": "People are now going to court for any legal issues that may arise", "luganda": "Abantu kati bagenda mu mbuga z'amateeka ku nsonga yonna ey'amateeka eyinza okujja." }, { "english": "It's the court that gives the date to hear court cases", "luganda": "Kkooti y'ewa olunaku olw'okuwulirizaako emisango gyayo" }, { "english": "Giving a court date depends on a number of issues", "luganda": "Kkooti okuwa olunaku kisinziira ku nsonga nnyingi." }, { "english": "People are no longer allowed in court for the fear of coronavirus", "luganda": "Abantu tebakyakkirizibwa mu kkooti olw'okutya kw'akawuka ka ssenyigga omukambwe" }, { "english": "People are to follow instructions provided by the government", "luganda": "Abantu baakugoberera ebiragiro ebyabawebwa gavumenti" }, { "english": "Not everyone is happy with a court ruling", "luganda": "Si buli omu nti musanyufu ku nsala ya kkooti" }, { "english": "Everyone is happy with a court ruling", "luganda": "Buli omu musanyufu n'ensala ya kkooti" }, { "english": "It's the court's responsibility to judge a person's wrongdoings", "luganda": "Buvunaanyizibwa bwa kkooti okulamula ebibi by'omuntu" }, { "english": "Nowadays people are taking matters into their own hands", "luganda": "Ennaku zino abantu ensonga bazimalira mu mikono gyabwe" }, { "english": "Nowadays people are not bothered by the president speech.", "luganda": "Ennaku zino abantu tebateganyizibwa na kwogera kwa mukulembeze w'eggwanga." }, { "english": "people do not know how to control their temper", "luganda": "Abantu tebamanyi ngeri yakufugamu busungu bwabwe" }, { "english": "you have a right to plead not guilty in a court", "luganda": "Olina olukusa okwewozaako mu kkooti" }, { "english": "people are now employing people who are below eighteen years of age", "luganda": "Abantu kati bawa abantu emirimu abali wansi w'emyaka kkumi na munana" }, { "english": "Nowadays everyone in the family has to work no matter what age they are.", "luganda": "Ennaku zino buli omu mu maka alina okukola si nsonga wa myaka ki?" }, { "english": "Many people are now involving children in farming.", "luganda": "Abantu bangi kati bayingizza abaana mu bulimi." }, { "english": "After schools closed children engaged in farming and selling of food.", "luganda": "Oluvannyuma lw'amasomero okuggalwa abayizi beenyigira mu bulimirunzi n'okutunda emmere." }, { "english": "Some pupils can not study on radio or television because they don't have them.", "luganda": "Abayizi abamu tebasobola kusomera ku ladiyo na ttivvi kubanga tebazirina." }, { "english": "The government is trying to educate parents on ways to protect their children's rights", "luganda": "Gavumenti egezaako okusomesa abazadde ku ngeri y'okukuumamu obuweebwa bw'abaana baabwe" }, { "english": "The government is trying to continue to educate the children even when they are at home", "luganda": "Gavumenti egezaako okwongera okusomesa abaana newankubadde bali waka" }, { "english": "after schools closed children are now looking for jobs", "luganda": "Oluvannyuma lw'amasomero okuggalwa abayizi bali mu kunoonya mirimu." }, { "english": "Children are being overworked either by their parents or other employers", "luganda": "Abaana kati bakozesebwa nnyo abazadde baabwe oba abakozesa abalala" }, { "english": "The government is doing whatever it can to protect children rights", "luganda": "Gavumenti ekola kyonna ekisoboka okukuuma eddembe ly'abaana" }, { "english": "The government has not done enough to protect children's rights.", "luganda": "Gavumenti tekoze kimala kukuuma ddembe ly'abaana." }, { "english": "The coronavirus has heavily impacted people's lives", "luganda": "Akawuka ka kolona kakyusizza nnyo obulamu bw'abantu" }, { "english": "After schools closed children engaged in farming and selling of food", "luganda": "Oluvannyuma lw'amasomero okuggalwa abaana beenyigira mu kulima n'okutunda emmere" }, { "english": "In Uganda some places are being turned into cities", "luganda": "Mu Uganda ebifo ebimu bifuulibwa bibuga" }, { "english": "Everything that has to be made has to first be passed through the committee for discussion", "luganda": "Buli kimu ekirina okukolebwa kirina kusooka kuyisibwa mu lukiiko kikubaganyizibweko ebirowoozo." }, { "english": "Let us set up a new committee.", "luganda": "Tutondewo akakiiko akapya." }, { "english": "People no longer go to the district offices to approve their construction plans", "luganda": "Abantu tebakyagenda mu yafeesi za disitulikiti okuyisa enteekateeka zabwe ez'okuzimba" }, { "english": "It's the district's responsibility to approve all construction plans before construction begins", "luganda": "Buvunaanyizibwa bwa disitulikiti okukakasa enteekateeka z'okuzimba ng'okuzimba tekunatandika" }, { "english": "For a district to develop all government bodies involved have to cooperate.", "luganda": "Disitulikiti okukulaakulana ebitongole bya gavumenti byonna ebirimu birina okukwatagana." }, { "english": "We need more cities in Uganda which look like Kampala.", "luganda": "Twetaaga ebibuga ebirala mu Uganda ebifaanana nga Kampala." }, { "english": "District councillors and members of parliament both deliver different plans for the district to people", "luganda": "Ba kansala ba disitulikiti n'ababaka ba paalamenti bonna bawa enteekateeka ez'enjawulo eri abantu ba disitulikiti" }, { "english": "Not all the leaders will have a common goal for their area", "luganda": "Si bakulembeze bonna nti bajja kubeera n'ekigendererwa eky'awamu eky'ekitundu kyabwe" }, { "english": "There is still an increase in corruption in the government", "luganda": "Wakyaliwo okweyongera mu bukenenuzi mu gavumenti" }, { "english": "The government is doing its best to fight corruption", "luganda": "Gavumenti ekola ky'esobola okulwanyisa obukenenuzi." }, { "english": "Improving agriculture is one of the things the government is focusing on", "luganda": "Okwongela ku mutindo gw'ebyobulimirunzi ky'ekimu ku bintu gavumenti by'etaddeko essira" }, { "english": "Public hospital doctors are not well paid", "luganda": "Abasawo b'amalwaliro ga gavumenti tebasasulwa bulungi" }, { "english": "The government take long to pay doctors in public hospitals", "luganda": "Gavumenti erwawo okusasula abasawo mu malwaliro gaayo" }, { "english": "Nowadays people are recovering from the coronavirus", "luganda": "Ennaku zino abantu bawona akawuka ka kolona." }, { "english": "Doctors and nurses put in a lot to make sure people are treated and healed", "luganda": "Abasawo ne ba kiyambi baabwe bateekamu nnyo okukakasa nti abantu bajjanjabwa era bawona" }, { "english": "It seems there is still fund embezzlement in the government", "luganda": "Kirabika wakyaliwo okukumpanya ensimbi mu gavumenti" }, { "english": "Paying people's salaries in time motivates them to work more", "luganda": "Okusasula abantu mu budde kibazzaamu amaanyi okukola ennyo" }, { "english": "Workers can strike if not paid in time", "luganda": "Abakozi basobola okwekalakaasa singa tebasasulwa mu budde" }, { "english": "It is not a must to pay all workers at the same time.", "luganda": "Si kya tteeka okusasula abakozi bonna mu kaseera ke kamu" }, { "english": "It is a good thing to have a bank account if you are working for the government", "luganda": "Kirungi okubeera n'akawunti mu bbanka singa okolera gavumenti" }, { "english": "You only get paid if you complete the tasks assigned to you", "luganda": "Osasulwa singa omaliriza obuvunaanyizibwa obukuwereddwa" }, { "english": "The government usually sends out money to local councils to pay their workers", "luganda": "Gavumenti bulijjo esindika ssente mu gavumenti z'ebitundu okusasula abakozi babwe" }, { "english": "During the coronavirus outbreak doctors and nurses received an increase in their salaries", "luganda": "Mu biseera by'okubalukawo kw'akawuka ka kolona abasawo n'abayambi baabwe baayongezebwa emisaala." }, { "english": "If work is done accountability is required", "luganda": "Singa omulimu guggwa embalirira yeetagisa" }, { "english": "The government tries to educate its people on the various diseases in the country", "luganda": "Gavumentuti egezaako okusomesa abantu baayo ku ndwadde ez'enjawulo mu ggwanga" }, { "english": "Majority of the people in Uganda use motorcycles as a form of transport", "luganda": "Abantu abangi mu Uganda bakozesa pikipiki ng'entambula" }, { "english": "Instead of people motorcycles are instructed to carry only cargo", "luganda": "Mu kifo ky'abantu pikipiki ziragirwa kusitula migugu gyokka" }, { "english": "A small issue can cause people to strike", "luganda": "Ensonga entono esobola okuleeterea abantu okwegugunga" }, { "english": "The president isn't the only one who makes decisions on the country's affairs", "luganda": "Omukulembeze w'eggwanga si yeyekka akola okusalawo ku bikwatagana ku nsonga z'eggwanga" }, { "english": "Majority of the youth in the country are motorists", "luganda": "Abavubuka abasinga obungi mu ggwanga bavuzi ba pikipiki" }, { "english": "The public is also free to suggest ideas for the government to look into", "luganda": "Abantu nabo baddembe okuwa gavumenti ebiteeso okutunulamu" }, { "english": "The government does what it can to protect its people from the coronavirus", "luganda": "Gavumenti ekola ky'esobola okukuuma abantu baayo okuva eri akawuka ka kolona." }, { "english": "The poverty rates in Uganda increased during the lockdown", "luganda": "Obwavu mu Uganda bweyongera mu kaseera k'omuggalo" }, { "english": "When will the vaccine for coronavirus come out?", "luganda": "Eddagala erigema akawuka ka kolona lifuluma ddi?" }, { "english": "We need new directives to assist in preventing the spread of coronavirus.", "luganda": "Twetaaga ebiragiro ebigya okuyamba mu kutangira okusaasaana kw'akawuka ka kolona." }, { "english": "A small issue can cause problems.", "luganda": "Ensonga entono esobola okuleeta ebizibu." }, { "english": "We have very many people in our family", "luganda": "Tulina abantu bangi mu maka gaffe" }, { "english": "Which kind of music do you like most?", "luganda": "Kika kya nnyimba ki ky'osinga okwagala?" }, { "english": "Who is your role model?", "luganda": "Ani gwe wenyumirizaamu?" }, { "english": "This is a rainy season.", "luganda": "Bino biseera bya nkuba" }, { "english": "Leadership is an opportunity given to serve the people.", "luganda": "Obukulembeze mukisa ogukuweebwa okuwereza abantu." }, { "english": "Christians purchased a brand new lorry for the diocese.", "luganda": "Abakulisitu baaguze loole empya eyekigo." }, { "english": "The lorry was bought at two hundred eighty-five million shillings.", "luganda": "Loole yagulwa obukadde bwa siringi ebikumi bibiri mu kinaana mu butaano" }, { "english": "The church will provide hiring services which will generate income.", "luganda": "Ekkanisa ejja kuteekawo obuweereza bw'okupangisa ekinaaleta enyingiza." }, { "english": "The clergy need to engage in business activities to improve their welfare.", "luganda": "Abakulembeze b'amadiini beetaaga okwenyigira mu mirimu gy'obusuubuzi okulongoosa obulamu bwabwe." }, { "english": "Christians came together to respond to the needs of the clergy.", "luganda": "Abakrisitu begasse okuddamu eri ebyetaago by'abakulembeze b'eddiini." }, { "english": "The lorry will be used to carry out business activities in Arua.", "luganda": "Loole ejja kukozesebwa okukola eby'obusuubuzi mu Arua" }, { "english": "The diocese will decrease on income spent on transferring clergies.", "luganda": "Essaza lijja kukendeeza sente zerisaasaanya ku kyusa bannaddiini." }, { "english": "The diocese has started to engage in business activities.", "luganda": "Essaza litandise okwenyigira mu mirimu gyobusuubuzi." }, { "english": "The diocese bought a brand new lorry to solve transport issues.", "luganda": "Esaza lyaguze loole empya okugyawo obuzibu bw'entambula." }, { "english": "The bishop team will embark on purchasing a brand new double cabin.", "luganda": "Ttiimu y'omulabirizi ejja kugenda okugula ddabo kabini empya ttuku." }, { "english": "The diocesan office was enclosed in a fence.", "luganda": "Yafesi y'essaza yetoolozeddwa olukomera." }, { "english": "Friends of the bishop is a group which was established in two thousand eighteen.", "luganda": "Mikwano gy'omulabirizi kibinja ekyatandikibwawo mu nkumi bbiri kkumi na munaana" }, { "english": "Madi and West Nile dioceses are the largest in the Church of Uganda.", "luganda": "Madi ne West Nile ge masaza agasinga obunene mu kereziya ya Uganda." }, { "english": "The diocese covers six districts.", "luganda": "Essaza litwala disitulikiti mukaaga." }, { "english": "There is the improved power supply in Arua through the Rural electrification agency.", "luganda": "Waliwo okulongooka mu kusaasaanya kw'amasannyalaze mu Arua okuyita mu kitongore ekisasanya amasannyalaze mu byalo." }, { "english": "A five hundred kilovolts generator was installed to boost power generation.", "luganda": "Genereeta ey'amaanyi ga kiro vooloti bitaano yateekebwawo okwongeza ku masannyalaze agakolebwa." }, { "english": "Six generators will increase the power supply up to nearly three megawatts.", "luganda": "Genereeta mukaaga zijja kwongeza ku masannyalaze okutuuka ku megawaati ssatu." }, { "english": "Two four megawatts generators will be installed after their transportation from Tororo.", "luganda": "Genereeta bbiri ez'amaanyi aga megawaati nnya zijja ku tekebwawo oluvannyuma lw'okuleetebwa okuva e Tororo." }, { "english": "A new generator will be installed at the factory.", "luganda": "Genereeta empya ejja kuteekebwa ku kkolero." }, { "english": "The limited power supply in the area has discouraged business from taking place.", "luganda": "Amasannyalaze amatono mu kitundu galemesezza eby'obusuubuzi okugenda mu maaso" }, { "english": "There have been unlimited cases of power outages in West Nile.", "luganda": "Wabaddewo embeera y'okuvaako kw'amasannyalaze mu West Nile." }, { "english": "The government of Uganda has encouraged power transmission in the area.", "luganda": "Gavumenti ya Uganda ekubirizza okutambuza kw'amasannyalaze mu kitundu." }, { "english": "People are worried that power may be costly.", "luganda": "Abantu beeraliikirivu nti amasannyalaze gandiba ag'ebbeeyi." }, { "english": "Improved supply of power will encourage the establishment of industries in the West Nile.", "luganda": "Okulongoosa amasannyalaze agasaasaanyizibwa kujja kutumbula okuteekebwawo kw'amakolero mu bugwanjuba bwa Nile." }, { "english": "People lack enough money to sustain their lives.", "luganda": "Abantu tebalina ssente zimala kuyimirizaawo bulamu bwabwe." }, { "english": "Some businesses cannot operate without power supply.", "luganda": "Bizinesi ezimu tezisobola kukola nga tewali masannyalaze." }, { "english": "The power generated in the region is insufficient for business and home use.", "luganda": "Amasannyalaze agakolebwa mu kitundu tegamala kuyimirizaawo bya busuubuzi n'okukozesa ewaka." }, { "english": "Electricity generation in Karuma will increase the supply of power in West Nile.", "luganda": "Amasannyalaze agakolebwa mu Karuma gajja kwongeza amasannyalaze agagenda mu West Nile." }, { "english": "The cost of power will not change.", "luganda": "Ebbeyi y'amasannyalaze tejja kukyuuka." }, { "english": "Arua catholic diocese lost a staunch Christian.", "luganda": "Essaza ly'ekereziya ey'ekikatoliki erya Arua lyafiirwa omukulisitu omugundiivu." }, { "english": "The doctor was suffering from malaria.", "luganda": "Omusawo yali yalwala omusujja." }, { "english": "May his soul rest in eternal peace.", "luganda": "Omwoyo gwe guwummule mirembe." }, { "english": "The deceased was against the church so the people refused to attend his burial.", "luganda": "Omugenzi yali tawagira kkanisa n'olwekyo abantu baagaanye okumuziika." }, { "english": "The Christian was expelled from the church for demanding rent arrears.", "luganda": "Omukulisitu yagobwa mu kkanisa lwa kubanja ssente z'obupangisa ezasooka." }, { "english": "The church needed an apologetic letter from the excommunicated Christian.", "luganda": "Ekkanisa yali yeetaga ebbaluwa y'ekisonyiwo okuva eri omukulisitaayo eyagobebwa." }, { "english": "The Christian explained that he did not commit any crime when he demanded rent.", "luganda": "Omukulisitaayo yanyonyola nti teyazza musango gwonna bwe yabanja ssente z'obupangisa." }, { "english": "The clergy refused to pray for him before he was laid to rest.", "luganda": "Bannaddiini baagaana okumusabira nga tannatwalibwa magombe." }, { "english": "The church lost another member.", "luganda": "Ekkanisa yafiridwa omukulisitu omulala." }, { "english": "He was also suffering from yellow fever.", "luganda": "Era yali alwadde omusujja gw'enkaka." }, { "english": "The clergy will not tolerate people who are against the church.", "luganda": "Omuwereza tajja kugumiikiriza bantu batayagaliza kkanisa." }, { "english": "The church congregation has lost six children since the beginning of the year.", "luganda": "Ekkanisa effiriddwa abaana mukaaga okuva omwaka we gwatandika." }, { "english": "The lease for the land given to them is expired.", "luganda": "Liizi y'ettaka gye baabawa yaggwako." }, { "english": "The Italian missionaries failed to pay for the lease over the land.", "luganda": "Abaminsane aba yitale baalemererwa okusasula liizi y'ettaka." }, { "english": "The church's failure to pay resulted in condemning the Christians.", "luganda": "Ekkanisa okulemererwa okusasula kwe kwavirako okuvumirira abakulisitu." }, { "english": "The role of the church is to spread the gospel.", "luganda": "Omulimu gw'ekkanisa gwa kusaasaanya njiri." }, { "english": "People want to rescue their land from the Church.", "luganda": "Abantu baagala kununula takka lyabwe okuva eri ekkanisa." }, { "english": "The parish council held a meeting to discuss the land dispute.", "luganda": "Akakiiko k'omuluka katuuza olukiiko okuteesa ku nkaayana z'ettaka." }, { "english": "Those who were against building a new church were expelled from the committee.", "luganda": "Abo abaali batakiriziganya na kuzimba kkanisa mpya baagobebwa ku kakiiko." }, { "english": "People with names on the list were supposed to confess their sins.", "luganda": "Abantu abaalina amannya gaabwe ku lukalala baali balina okwatula ebibi by'abwe." }, { "english": "The church will turn the disputed land into freehold.", "luganda": "Ekkanisa ejja kukyusa ettaka ly'enkaayana erizze mu ly'ekyapa." }, { "english": "People should be informed about the significance of the budget in the country.", "luganda": "Abantu balina okutegezebwa amakulu g'embalirira y'egwanga." }, { "english": "People would be able to demand accountability from the government.", "luganda": "Abantu bandibadde basobola okubanja gavumenti embalirira." }, { "english": "Citizens have a duty to monitor and regulate the operations of the government.", "luganda": "Bannansi bayina omulimu gw'okulondoola n'okulungamya enkola za gavumenti." }, { "english": "People in west Nile should be informed about how and why they should pay taxes.", "luganda": "Abantu mu West Nile balina okutegezebwa ngeri ki na lwaki balina okusasula omusolo." }, { "english": "Uganda revenue authority has set up various conferences to educate people about taxation.", "luganda": "Ekitongole ekikungaanya omusolo mu Uganda kitegeseewo enkungaana ez'enjawulo okusomesa abantu ku by'emisolo." }, { "english": "People should give out their views on the taxation policies in the country.", "luganda": "Abantu bayina okuwa endowoza zaabwe ku mpa y'omusolo mu ggwanga." }, { "english": "People are not concerned about the regularities and irregularities in the tax policy.", "luganda": "Abantu tebafaayo ku butuufu n'obutali butuufu bw'ennambika y'omusolo." }, { "english": "People should advocate for changes in the tax policy.", "luganda": "Abantu bayina okuwagira enkyukakyuka mu nnambika y'emisolo." }, { "english": "Various groups have been established in West Nile to fight tax injustices.", "luganda": "Ebibinja eby'enjawulo bitandikiddwa mu bugwanjuba bwa Nile okulwanyisa obutali bwekanya mu kusasula emisolo." }, { "english": "The groups are focusing on educating people about tax laws.", "luganda": "Ebibinja bitadde essira ku kusomesa abantu ebikwata ku mateeka ge'misolo." }, { "english": "The group will involve politicians in the course to achieve tax reforms.", "luganda": "Ekibinja kijja kuteekamu bannabyabufuzi gye bujja okufuna enkyukakyuka mu by'emisolo." }, { "english": "People held meetings to discuss the existing challenges in the society.", "luganda": "Abantu batuula enkiiko okukubaganya ebirowoozo ku bisomooza ebiri mu kitundu." }, { "english": "The Muslim cleric was sworn in unlawfully.", "luganda": "Omukulembeze w'abasiraamu yalayiziddwa mu ngeri emenya amateeka." }, { "english": "He was confirmed as the representative for Muslim leaders.", "luganda": "Yakakasiddwa okukiikirira abakulembeze b'abasiraamu." }, { "english": "The defendant did not appear in court.", "luganda": "Omuwawaabirwa teyalabise mu kkooti." }, { "english": "Some Muslim leaders are causing disunity.", "luganda": "Abakulembeze b'abasiraamu abamu baleetawo okweyawulayawula." }, { "english": "The people of Arua elected a new Muslim leader.", "luganda": "Abantu b' Arua balonze omukulembeze w'abasiraamu omupya." }, { "english": "Some Muslims are not content with the actions of their leaders.", "luganda": "Abasiraamu abamu si bamativu n'ebikolwa by'abakulembeze baabwe" }, { "english": "Some Muslims broke away from the Supreme Council when it sold off Muslim properties.", "luganda": "Abasiraamu abamu beyawula ku kakiiko akakulu bwe katunda ebintu by'obusiraamu." }, { "english": "The new supreme Khadi has the qualities of a good leader.", "luganda": "Omukulu wa ba kadhi ayina ebisaanizo by'omukulembeze omulungi." }, { "english": "Muslims should work together and serve the people.", "luganda": "Abasiraamu balina okukolera awamu baweereze abantu." }, { "english": "Muslim leaders are supposed to be united and not disunited.", "luganda": "Abakulembeze b'abasiraamu bateekeddwa okwegatta so si kwawukana." }, { "english": "Representatives of the supreme council vowed to stop the installation of the new Khadi.", "luganda": "Abakiikirira akakiiko akatwala abasiraamu beerayirira okukomya okutuuza khadi omupya." }, { "english": "Muslims explained why a diocese could not have two leaders at the same time.", "luganda": "Abasiraamu bannyonyola lwaki obulabirizi tebuteekeddwa kuba n'abakulembeze babiri omulundi gumu." }, { "english": "People vowed to fight for unity and togetherness in Arua district.", "luganda": "Abantu mu Arua beyama okulwanirira okubeera obumu n'okukolera awamu." }, { "english": "The youths will be equipped with leadership skills.", "luganda": "Abavubuka bajja kuwebwa obukugu mu by'obukulembeze." }, { "english": "The officials will organise debates in schools about the prevailing challenges in society.", "luganda": "Abakungu bajja kutegeka okukubaganya ebirowoozo mu masomero ku kusoomoza okugenda maaso mu kitundu." }, { "english": "The program targets student leaders who will be nurtured and groomed in leadership.", "luganda": "Pulogulamu etunuulidde abakulembeze b'abayizi abanaakuzibwa era ne bateekebwateekebwa mu bukulembeze." }, { "english": "The program aims at grooming students to be the leaders of tomorrow.", "luganda": "Pulogulamu egenderera okuteekateeka abayizi okubeera abakulembeze b'enkya." }, { "english": "Students should be allowed to participate in decision making.", "luganda": "Abayizi balina okukirizibwa okwetaba mu kusalawo." }, { "english": "Students will acquire knowledge about governance.", "luganda": "Abayizi bajja kufuna amagezi ku ngeri y'okukulembera." }, { "english": "People should be informed about the rules and regulations for society.", "luganda": "Abantu balina okutegeezebwa ku mateeka nebigobererwa eby'ekitundu." }, { "english": "Students will compete at the national level about the dynamics in governance.", "luganda": "Abayizi bajja kuvuganya ku mutendera gw'eggwanga ku nkyukakyuka mu bufuzi." }, { "english": "The best students will be trained for the inter-regional competitions.", "luganda": "Abayizi abanaasinga bajja kutendekebwa mu kuvuganya kw'ebitundu." }, { "english": "The project will unite and promote patriotism in the country.", "luganda": "Pulojekiti ejja kugatta n'okutumbula omwoyo gw'eggwanga mu ggwanga." }, { "english": "Students should know about governance to understand current political trends.", "luganda": "Abayizi balina okumanya ku bukulembeze okutegeera ebyobufuzi ebigenda mu maaso." }, { "english": "Ugandans need to be educated and informed to reform their country.", "luganda": "Bannayuganda beetaaga okusomesebwa nokutegezebwa okuzza obuggya eggwanga lyabwe." }, { "english": "The president should grant Arua a city status.", "luganda": "Omukulembeze w'eggwanga alina okuwa Arua embeera y'ekibuga." }, { "english": "The president should provide for his people.", "luganda": "Omukulembeze w'eggwanga alina okugabirira abantu be." }, { "english": "The district aims at establishing a regional airport.", "luganda": "Disitulikiti egenderera okuzimba ekisaawe ky'ennyonyi eky'ekitundu ekyo." }, { "english": "The government should distribute resources evenly to various regions.", "luganda": "Gavumenti eteekeddwa okugabanya ebikozesebwa kye nkanyi mu bitundu eby'enjawulo." }, { "english": "A new plan for developing Arua should be made.", "luganda": "Enteekateeka empya ey'okulaakulanya Arua eteekeddwa okukolebwa." }, { "english": "The district officials informed the president about the challenges faced by the people.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti baategeezezza omukulembeze w'eggwanga ku bisoomooza abantu." }, { "english": "There is a lot of politicking in the government.", "luganda": "Waliwo ebyobufuzi bingi mu gavumenti." }, { "english": "The city status comes with an increase in funding.", "luganda": "Eddala ly'ekibuga lijja n'okweyongera mu kuvujjirirwa." }, { "english": "Officials in Arua are advocating for city status.", "luganda": "Abakungu mu Arua basaba mbeera ya kibuga." }, { "english": "District officials are focused on improving the welfare of the people.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti basimbye essira ku kulongoosa embeera yabantu." }, { "english": "Residents in Arua district have engaged in business activities.", "luganda": "Abatuuze mu Arua beetabye mu by'obusuubuzi." }, { "english": "Arua district has a shortage of power supply.", "luganda": "Disitulikiti y'Arua eyina ebbula ly'amasannyalaze." }, { "english": "Water and electricity supply should be extended to rural areas.", "luganda": "Amazzi n'amasannyalaze birina okwongezebwa mu byalo." }, { "english": "Some businesses depend on electricity for their operations.", "luganda": "Bizinesi ezimu okutambula ziyimirirawo ku masannyalaze." }, { "english": "The museum attracts tourists.", "luganda": "Etterekero ly'ebyafaayo lisikiriza abalambuzi." }, { "english": "Tourists come to Uganda to visit game reserves and other tourism sites.", "luganda": "Abalambuzi bajja mu Uganda okukyalira amakuumiro g'ebisolo n'ebyobulambuzi ebirala." }, { "english": "A sample is often a portion of the whole.", "luganda": "Sampolo etera kubeera kitundu ku kiramba." }, { "english": "What conditions are available for a municipality to gain a city status?", "luganda": "Mbeera ki eziriwo Munisipaali okufuuna embeera y'ekibuga." }, { "english": "Islam is one of the religions in Uganda.", "luganda": "Obusiraamu y'emu ku ddiini eziri mu Uganda." }, { "english": "The sheikh teaches and guides members of the Islamic faith.", "luganda": "Seeka asomesa n'okulambika abasiraamu." }, { "english": "People express their loyalty in different ways.", "luganda": "Abantu balaga obwetowaze mu ngeri ez'enjawulo" }, { "english": "Moslems go to the mosque for prayers.", "luganda": "Abasiraamu bagenda mu muzikiti okusaala." }, { "english": "Catholic and protestant religions are administratively organised.", "luganda": "Eddiini y'ekikatolika n'eyabapoto zaategekebwa mu nsengeka y'obufuzi ennungi." }, { "english": "Youths love to use slogans in their conversations.", "luganda": "Abavubuka baagala nnyo okukozesa engombo mu kunyumya kwabwe." }, { "english": "The police's role is to keep law and order in the community.", "luganda": "Omulimu gwa poliisi gwa kukuuma mateeka n'obutebenkevu mu kitundu." }, { "english": "Religions are allowed to form associations in Uganda.", "luganda": "Amadiini gakkirizibwa okukola ebibiina mu Uganda." }, { "english": "Is it appropriate to register mosques as non-government organisations?", "luganda": "Kisaanidde okuwandiisa emizikiti ng'ebitongole eby'obwannakyewa?" }, { "english": "New leaders are usually sworn in for the new leadership positions.", "luganda": "Abakulembeze abapya balayizibwa bawebwe ebifo byabwe eby'obukulembeze" }, { "english": "They demonstrated in protest to the new policy passed.", "luganda": "Beekalakasa nga bawakanya enkola empya eyali eyisiddwa." }, { "english": "Obey the law and you shall have no issues with the police.", "luganda": "Gondera amateeka oleme kubeera na nsonga na poliisi." }, { "english": "Sanitary pads are a necessity for women.", "luganda": "Obuwero obwambalwa abakyaala nga bali munsonga kyetaago ky'abakyala." }, { "english": "Cotton and threads are some of the materials used in making reusable pads.", "luganda": "Pamba n'obuwuzi by'ebimu ku bikozesebwa mu kukola obuwero bw'ekikyala obukozesebwa emirundi." }, { "english": "Reusable pads are relatively cheap to make.", "luganda": "Obuwero bw'ekikyala obukozesebwa emirundi bwa layisi okukola." }, { "english": "I love craftwork.", "luganda": "Njagala nnyo ebibajje." }, { "english": "Many people are educated but they do not have jobs.", "luganda": "Abantu bangi bayivu naye tebalina mirimu." }, { "english": "Unemployment among youths is very high in Uganda.", "luganda": "Ebbula ly'emirimu mu bavubuka liri waggulu mu Uganda." }, { "english": "A skill acquired can be used to make money.", "luganda": "Obukugu obuyigiddwa busobola okukozesebwa okukola ensimbi." }, { "english": "Youths are being trained in different skills like hairdressing.", "luganda": "Abavubuka bali mu kutendekebwa mu bukugu obw'enjawulo nga okukola enviiri." }, { "english": "Literally women are not allowed to take alcohol.", "luganda": "Mu bya ddala abakazi tebakirizibwa kunywa mwenge." }, { "english": "International women's day is celebrated on the eighth of March every year.", "luganda": "Olunaku lw'abakyala mu nsi yonna lukuzibwa nga munaana mu mwezi gwa mugulansingo buli mwaka." }, { "english": "What are some of the reproductive health rights and services?", "luganda": "Biki ebimu ku by'obulamu bw'okuzaala n'obuweereza obulungi?" }, { "english": "What should be done for women to stop consuming alcohol?", "luganda": "Kiki ekiteekeddwa okukolebwa abakazi okulekeraawo okunywa omwenge?" }, { "english": "In some societies women are treated as a priority.", "luganda": "Mu bitundu ebimu abakyala batwalibwa nga ba muwendo." }, { "english": "Report your complaints to the police station if necessary.", "luganda": "Loopa okwemulugunya kwo ku poliisi bwe kiba nga kyetagisa." }, { "english": "Sachet waragi was banned in Uganda.", "luganda": "Walagi w'omubuveera yawerebwa mu Uganda." }, { "english": "Alcohol is usually packaged in glass bottles.", "luganda": "Omwenge bulijjo gusabikibwa mu ccupa za giraasi." }, { "english": "What evidence is there to prove that she has been domestically violated?", "luganda": "Bujulizi ki obuliwo obukakasa nti omukyala yatulugunyizibwa?" }, { "english": "Do not believe every propaganda.", "luganda": "Tokkiririza mu buli kyogerebwa." }, { "english": "The organisation has come out to support the women in society.", "luganda": "Ekitongole kivuddeyo okuyamba abakyala mu kitundu." }, { "english": "Women can also contribute positively to society.", "luganda": "Abakyala nabo basobola okugatta ku kitundu." }, { "english": "Men women and children need to be sensitized about their roles in a home.", "luganda": "Abasajja abakyala n'abaana beetaga okutegezeebwa ku mulimu gyabwe mu maka." }, { "english": "Some government projects can only be successful if publicly embraced.", "luganda": "Pulojekiti za gavumenti ezimu zisobola okuwangula bwe ziba zaaniriziddwa abantu." }, { "english": "Increased household income leads to improved standards of living.", "luganda": "Enyingiza y'awaka bwe yeyongera ky'ongera ku mutindo gw'obulamu ewaka." }, { "english": "Farmers are more in rural areas than in the towns.", "luganda": "Abalimi bali nnyo mu byalo okusinga mu bibuga." }, { "english": "A group consists of three and more members.", "luganda": "Ekibinja kikolebwa ba memba basatu n'okusoba." }, { "english": "Given the current rainy season only farmers are the beneficiaries of it.", "luganda": "Mu kino ekiseera ky'enkuba balimi bokka be bakifunyemu." }, { "english": "Fertile land is very good for crop growing.", "luganda": "Etakka egimu ddungi okusimbamu ebimera." }, { "english": "Government has funded several projects.", "luganda": "Gavumenti ettadde ssente mu pulojekiti nnyingi." }, { "english": "Some government programs have created no impact on society.", "luganda": "Pulogulamu za gavumenti ezimu tezirina kye zikyusizza mu kitundu." }, { "english": "Very few people will benefit from the upcoming land bill.", "luganda": "Abantu batono nnyo abajja okuganyulwa okuva mu tteeka ly'etakka erigenda okuteekebwawo." }, { "english": "Of what benefit shall electronic vouchers be to the farmers?", "luganda": "Obukonge obusomebwa ebyuma bwa mugaso ki eri abalimi?" }, { "english": "Cassava is one of the foods I enjoy most.", "luganda": "Muwogo y'emu ku mmere gye mpomerwa ennyo." }, { "english": "Farmers are encouraged to create diversity in their activities.", "luganda": "Abalimi bakubirizibwa okukola ebintu eby'enjawulo mu mirimu gyabwe." }, { "english": "What could cause the public to reject certain government projects?", "luganda": "Ki ekiviirako abantu okugaana pulojekiti za gavumenti ezimu?" }, { "english": "How can we introduce modern farming to farmers?", "luganda": "Tuyinza kwanjula tutya ennima y'omulembe eri abalimi?" }, { "english": "What is the role of the Ministry of Agriculture Animal Industry and Fisheries in Uganda?", "luganda": "Mugaso ki ogwa Minisitule y'obulimirunda mu Uganda?" }, { "english": "Few people turned up for the program registration.", "luganda": "Abantu batono abazze okwewandiisa mu pulogulamu." }, { "english": "Farmers have hope in their farm produce.", "luganda": "Abalimirunzi balina essuubi mu bye bafulumya." }, { "english": "Farmers with a common interest form groups.", "luganda": "Abalimi abafaananya ebyetaago bakola ebibiina." }, { "english": "Commitment towards anything is essential.", "luganda": "Kyamugaso nnyo okwewayo eri ekintu kyonna." }, { "english": "You should network with other people in the business.", "luganda": "Oteekeddwa okukwatagana n'abantu abalala ku mulimu." }, { "english": "Government invests heavily in various projects to benefit the public.", "luganda": "Gavumenti etteka nnyo ensimbi mu pulojekiti nnyingi okugasa abantu." }, { "english": "Why didn't you enrol to that mathematics course?", "luganda": "Lwaki tewewandiisa ku musomo gw'okubala oggwo?" }, { "english": "Farmers did not register because they were not interested.", "luganda": "Abalimirunzi tebewandiisa kubanga baali tebagaala." }, { "english": "Cassava can be used to make cassava flour.", "luganda": "Muwogo asobola okukozesebwa okukola obuwunga bwa mawogo." }, { "english": "What are some of the crops grown in West Nile Uganda?", "luganda": "Bimera ki ebisimbibwa ebugwa njuba bwa Nile mu Uganda?" }, { "english": "Almost all of the prisons in Uganda are government-owned.", "luganda": "Kumpi amakomera gonna mu Uganda ga gavumenti." }, { "english": "What does the court of appeal registrar do?", "luganda": "Omuwandiisi w'ekkooti akola ki?" }, { "english": "Is it necessary to make an election petition?", "luganda": "Kyetaagisa okukola ekiwandiiko ky'emisango gy'okulonda?" }, { "english": "Court orders must be obeyed.", "luganda": "Ebiragiro bya kkooti biyina okugonderwa." }, { "english": "What is a warranty for court purposes?", "luganda": "Ekiwandiiko kya kkooti ekiragira okukwata omuntu kya migaso ki?" }, { "english": "The judge can dismiss any court case.", "luganda": "Omulamuzi asobola okugoba omusango gwa kkooti gwonna." }, { "english": "By use of ballot papers you can now secretly cast your vote.", "luganda": "Nga tukozesa obukonge bw'okulonda osobola kati okulonda gw'oyagala mu kyama." }, { "english": "The electoral commission is in charge of elections in Uganda.", "luganda": "Akakiiko k'ebyokulonda ke kavunaanyizibwa ku by'okulonda mu Uganda." }, { "english": "Lawyers assist their clients on issues concerning the law.", "luganda": "Bannamateeka bayamba be bawolereza ku nsonga ez'ekuusa ku by'amateeka." }, { "english": "Judges must be just and fair in their rulings.", "luganda": "Abalamuzi balina okuba abenkanya n'abamazima mu kulamula kwabwe." }, { "english": "In elections voters are allowed to vote for their preferred leaders.", "luganda": "Mu kulonda abalonzi bakkirizibwa okulonda omukulembeze gwe beyagalidde." }, { "english": "Who is an appellant?", "luganda": "Ani akyusisa okusalawo kwa kkooti?" }, { "english": "Those who fail to pay fines can also be taken to prison.", "luganda": "Abalemererwa okusasula fayini nabo basobola okutwalibwa mu kkomera." }, { "english": "Why should he be removed from parliament?", "luganda": "Lwaki ateekeddwa okuggibwa mu lukiiko oluteeseza eggwanga?" }, { "english": "Under what conditions are by-elections held?", "luganda": "Mu mbeera ki okulonda lwe kuddibwaamu?" }, { "english": "What shall the health science laboratory be used for in the University?", "luganda": "Ekkeberero ly'ebyobulamu linaaba lya mugaso ki mu ssettendekelo?" }, { "english": "How many public universities are in Uganda?", "luganda": "Ssetendekero za gavumenti mmeka eziri mu Uganda." }, { "english": "Being a university student I have to go to the university campus.", "luganda": "Okubeera omuyizi mu ssetendekero nina okugenda ku mbuga y'ettendekero." }, { "english": "We have private universities in Uganda.", "luganda": "Tulina zi ssettendekero ez'obwannanyini mu Uganda." }, { "english": "How much capacity can a standard university hold?", "luganda": "Ssettendekero atuukiridde alina kuwanirira muwendo ki?" }, { "english": "At the university students are encouraged to do research.", "luganda": "Ku ssettendekero abayizi bakubirizibwa okukola okunonyereza." }, { "english": "Contracts are legally binding.", "luganda": "Endagaano zeetololera ku mateeka." }, { "english": "Universities are higher institutions of learning.", "luganda": "Zi ssettendekero matendekero aga waggulu mu kuyiga." }, { "english": "Workers are encouraged to be transparent in their operations.", "luganda": "Abakozi bakubirizibwa okuba abeerufu mu bye bakola." }, { "english": "Youths are more energetic and active than the elderly.", "luganda": "Abavubuka balina amanyi mangi era bakozi okusinga abakadde." }, { "english": "The law should punish corrupt public officials.", "luganda": "Amateeka gateekeddwa okubonereza abakungu ba gavumenti abalyake." }, { "english": "Work is for a specified period of time.", "luganda": "Omulimu gw'akaseera akagere." }, { "english": "Some leaders are dictators.", "luganda": "Abakulembeze abamu bannakyemalira." }, { "english": "There is stiff competition among politicians.", "luganda": "Waliwo okuvuganya okw'amanyi mu bannabyabufuzi." }, { "english": "Do we need a selfish leader?", "luganda": "Twetaaga omukulembeze eyerowozaako yekka?" }, { "english": "Very many people long for freedom.", "luganda": "Abantu bangi bayayaanira eddembe." }, { "english": "Politicians usually have a great following of people.", "luganda": "Bannabyabufuzi bulijjo bayina abantu bangi ababagoberera." }, { "english": "Legislators write and pass laws.", "luganda": "Abakozi b'amateeka bawandiika n'okuyisa amateeka." }, { "english": "Corruption is a great hindrance to development.", "luganda": "Obuli bw'enguzi bukugira nnyo enkulaakulana." }, { "english": "Forgive those that wrong you.", "luganda": "Ssonyiwa abo abakusobya." }, { "english": "Health centre projects benefit society.", "luganda": "Pulojekiti z'ebyobulamu zigasa ekitundu." }, { "english": "The current regime has not done enough.", "luganda": "Guno omulembe oguliko tegukoze kimala." }, { "english": "Why are you drunk?", "luganda": "Lwaki otamidde?" }, { "english": "My cow gave birth today.", "luganda": "Ente yange yazadde leero." }, { "english": "Why do I confuse people's names?", "luganda": "Lwaki mbuzabuza amanya g'abantu?" }, { "english": "What are the basic needs of a family?", "luganda": "Byetaago ki ebikulu mu maka?" }, { "english": "How many cows do you have?", "luganda": "Oyina ente mmeka?" }, { "english": "Drinking too much alcohol over time can cause chronic physical and mental issues.", "luganda": "Okunywa omwenge omungi okumala ebbanga eddene kusobola okukuviirako obulabe ku mubiri ne ku bwongo." }, { "english": "This is classified information.", "luganda": "Bunno obubaka bwa kyama." }, { "english": "Is consumption an infectious disease?", "luganda": "Okulya bulwadde obukwata?" }, { "english": "How would you rank your staff level of commitment towards work?", "luganda": "Obunyiikivu bw'abakozi bo eri omulimu obutwalira ku ddaala ki?" }, { "english": "I am doing a course at university.", "luganda": "Ndi mu kukola kkoosi ku ssetendekero." }, { "english": "Why is unemployment among youths high?", "luganda": "Lwaki ebbula ly'emirimu mu bavubuka liri waggulu?" }, { "english": "Have you signed your work contract?", "luganda": "Osiza omukono ku ndagaano yo ey'omulimu?" }, { "english": "How can we improve learning in refugee communities?", "luganda": "Tuyinza tutya okulongoosa eby'enjigiriza mu bitundu by'abanoonyiboobubudamu?" }, { "english": "A ceremony is a formal event held on special occasions.", "luganda": "Omukolo kijaguzo ekitongole ekibaawo ku budde obw'enjawulo." }, { "english": "Why do parents fail to understand their kids?", "luganda": "Lwaki abazadde balemererwa okutegeera abaana baabwe?" }, { "english": "Decide what your studying goals are for each semester and each week.", "luganda": "Ssalawo ebirubirirwa byo mu kusoma mu buli lusoma nabuli sabbiiti." }, { "english": "When communicating with others we often focus on what we should say.", "luganda": "Nga twogerezegannya n'abalala tutera okuteeka essira ku biki bye tuyina okwogera." }, { "english": "This region is densely populated.", "luganda": "Ekitundu kino kirimu abantu bangi." }, { "english": "We need to trust one another.", "luganda": "Twetaaga okwesigangana." }, { "english": "Learn how your personality type influences your life.", "luganda": "Yiga engeri eneeyisa yo gy'ekosaamu obulamu bwo." }, { "english": "Uganda is a beautiful country.", "luganda": "Uganda nsi mbalagavu." }, { "english": "What you need is quality education.", "luganda": "Kye wetaaga bya njigiriza birungi." }, { "english": "What is your highest level of education?", "luganda": "Wakomawa mukusoma kwo?" }, { "english": "What type of training have you received from the conference?", "luganda": "Ofunye kutendekebwa ki okuva mu lukungaana?" }, { "english": "When are you taking that quiz?", "luganda": "Weetaba ddi mu kubuuzibwa okwo?" }, { "english": "The woman introduced her man to her parents.", "luganda": "Omukyala yayanjulidde bazadde be omwami." }, { "english": "What are your achievements?", "luganda": "Biki by'otuseeko?" }, { "english": "He is mentally ill.", "luganda": "Mulwadde wa bwongo." }, { "english": "Do we have any group work?", "luganda": "Tulinayo omulimu gw'awamu?" }, { "english": "What should I expect on the quiz?", "luganda": "Kiki kye mba nsuubira mu kubuuzibwa?" }, { "english": "What is the English pass mark?", "luganda": "Olungereza luyitibwa na bubonero ki?" }, { "english": "Do you know any quiz we take?", "luganda": "Omanyiyo okubuuzibwa kwe tutwala?" }, { "english": "What is your talent?", "luganda": "Ekitone kyo kye kiruwa?" }, { "english": "Creativity is needed in your work.", "luganda": "Obuyiiya bwetaagisa ku mulimu ggwo." }, { "english": "How many quizzes have you taken so far?", "luganda": "Waakabuuzibwa emirundi emmeka kati?" }, { "english": "Many people practice agriculture in Uganda.", "luganda": "Abantu bangi bakola gwa bulimi na bulunzi mu Uganda." }, { "english": "What are undisclosed-recipients?", "luganda": "Abaganyuzi abasirikirwa be baki?" }, { "english": "She promised to pay for my school fees.", "luganda": "Yasuubiza okunsasulira ebisale byange eby'esomero." }, { "english": "We need to plant more trees.", "luganda": "Twetaga okusimba emiti emirala." }, { "english": "Do you believe in God?", "luganda": "Okkiririza mu katonda?" }, { "english": "Let me see your creation.", "luganda": "Kandabe ky'otonzeewo." }, { "english": "Fruits are a source of vitamins.", "luganda": "Ebibala nsibuko ya vitamiini." }, { "english": "When are you planting the mango seedlings?", "luganda": "Osimba ddi ensigo z'emiyembe?" }, { "english": "What are the rest of the children doing?", "luganda": "Abaana abalala bakolaki?" }, { "english": "Let him rest in peace.", "luganda": "Mumuleke awummule mirembe." }, { "english": "He encouraged me to start a business.", "luganda": "Yankubiriza okutandika omulimu." }, { "english": "I am selling my land.", "luganda": "Ntunda ettaka lyange." }, { "english": "We need to embrace the change.", "luganda": "Twetaga okwaniriza enkyukakyuka." }, { "english": "What is commercial farming?", "luganda": "Okulima kw'ensimbi kye ki?" }, { "english": "Which things were donated to orphans?", "luganda": "Bintu ki ebyaweebwa ba mulekwa?" }, { "english": "We hold delegates meetings twice a year.", "luganda": "Tutuuza olukiiko lw'abalondebwa emirundi ebiri mu mwaka." }, { "english": "Am so overwhelmed with work.", "luganda": "Nsanikiddwa n'ebyokukola bingi." }, { "english": "Do you have the election results?", "luganda": "Olina ebyavudde mu kulonda?" }, { "english": "I inherited this land from my parents.", "luganda": "Nasikira ettaka lino okuva ku bazadde bange." }, { "english": "Which program did you apply for?", "luganda": "Pulogulaamu ki gye wasaba?" }, { "english": "How can we increase food production in Uganda?", "luganda": "Tusobola tutya okwongeza emmere erimibwa mu Uganda?" }, { "english": "What is a project timeline?", "luganda": "Pulojekiti eteekeddwateekeddwa etya?" }, { "english": "In which year were you born?", "luganda": "Wazaalibwa mu mwaka ki?" }, { "english": "He is planting maize this season?", "luganda": "Agenda kusimba kasooli olulima luno?" }, { "english": "A village is a small community or group of houses in rural areas.", "luganda": "Ekyalo ky'ekitundu ekitono oba amayumba agali awamu mu kyalo." }, { "english": "What are the types of fishing?", "luganda": "Bika ki eby'okuvuba?" }, { "english": "Payroll is the list of employees who get paid by the company.", "luganda": "Payroll lwe lukalala lw'abakozi abasasulibwa ekitongole." }, { "english": "How many acres do you have?", "luganda": "Olina yiika mmeka?" }, { "english": "Am waiting for my driver.", "luganda": "Ninda muvuzi wange." }, { "english": "What is your email address?", "luganda": "Meyiro yo eri ki?" }, { "english": "Share your resume with the human resource.", "luganda": "Gabana ebiwandiiko ebikukwatako n'akulira abakozi." }, { "english": "Green is my favourite colour.", "luganda": "Kiragala ye langi gye nsinga okwagala." }, { "english": "To win the trophy we need to win every single game.", "luganda": "Okuwangula ekikopo twetaaga okuwangula buli mupiira." }, { "english": "We had a good game today.", "luganda": "Twabadde n'omuzannyo omulungi leero." }, { "english": "He is missing his family.", "luganda": "Asubwa amaka ge." }, { "english": "What are half time scores?", "luganda": "Ekitundu ekisooka bakoze batya?" }, { "english": "Who is taking the penalty?", "luganda": "Ani anakuba akanya?" }, { "english": "Have you missed me?", "luganda": "Onsubiddwa?" }, { "english": "Who was the man of the match?", "luganda": "Ani yasinze mu bazanyi?" }, { "english": "In which stadium will the match take place?", "luganda": "Omupiira gunaazanyibwa mu kisaawe ki?" }, { "english": "What are the strategic objectives?", "luganda": "Ebigendererwa ebiteeketeeke bye biriwa?" }, { "english": "You must invest in yourself.", "luganda": "Olina okweteekamu ssente." }, { "english": "Will you be applying to the university?", "luganda": "Onaasaba ekifo ku ssetendekelo?" }, { "english": "How can we protect a girl child?", "luganda": "Tuyinza tutya okukuuma omwana ow'obuwala?" }, { "english": "He encouraged the students not to drop out of school.", "luganda": "Yakubiriza abayizi obutava mu kusoma." }, { "english": "I decided to ignore his rude remarks.", "luganda": "Nasalawo okwesonyiwa bye yayogera obubi." }, { "english": "It's been a decade since I started this business.", "luganda": "Giweze emyaka kkumi okuva lwe natandika mulimu guno." }, { "english": "We need to empower communities.", "luganda": "Tulina okutumbula ebitundu." }, { "english": "The school is celebrating ten years of its existence.", "luganda": "Essomero lijaguza emyaka kumi bukyanga libeerawo." }, { "english": "You should pay your bills.", "luganda": "Oteekeddwa okusasula ebbaluwa zo ezibanja." }, { "english": "Heavy rains and strong winds destroy people's property.", "luganda": "Enkuba enyingi n'empewo byonoona ebintu by'abantu." }, { "english": "We have guests today.", "luganda": "Tulina abagenyi leero." }, { "english": "Where can I buy a girl's shoes?", "luganda": "Wa wensobola okugula engato z'abawala?" }, { "english": "Why is it important to educate girls?", "luganda": "Lwaki kya mugaso okusomesa abaana abawala?" }, { "english": "Father is the head of the family.", "luganda": "Taata ye mukulu w'amaka." }, { "english": "It has rained all day.", "luganda": "Enkuba etonnye olunaku lulamba." }, { "english": "I have been scheduled for an interview.", "luganda": "Mpeereddwa obudde bw'okukoleramu yintaviyu." }, { "english": "I intend to visit my grandmother in the village.", "luganda": "Ntegeka kukyalira jjajja wange omukazi mu kyalo." }, { "english": "Which construction company got the contract to build roads?", "luganda": "Kampuni ki ezimba eyafuna endagaano y'okuzimba enguudo?" }, { "english": "We need to maintain social distance.", "luganda": "Twetaaga okukuuma amabanga wakati waffe." }, { "english": "Have you got your academic report?", "luganda": "Ofunye ebbaluwa yo ey'obuyigirize?" }, { "english": "Shillings is the currency used in Uganda.", "luganda": "Siringi ze ssente ezikozesebwa mu Uganda." }, { "english": "Many Uganda voters are in fear of violence in the next elections.", "luganda": "Bannayuganda abalonzi bangi bali mu kutya olw'obuvuyo mu kulonda okuddako." }, { "english": "Plans can be implemented.", "luganda": "Enteekateeka zisobola okuteekebwa mu nkola." }, { "english": "Do politicians break their promises once in government?", "luganda": "Bannabyabufuzi bamenya ebisuubizo byabwe nga batuuse mu gavumeenti?" }, { "english": "All Ugandans have to stand together as one.", "luganda": "Bannayuganda bonna balina okuyimirira wamu ng'ekitole." }, { "english": "Why do African presidents rule till old age?", "luganda": "Lwaki abakulembeze ba Africa bafuga mpaka ku myaka emikadde?" }, { "english": "Women's participation in politics helps to advance gender equality.", "luganda": "Abakyala okwetaba mu by'obufuzi kiyambako okwongeza ku mwenkanonkano." }, { "english": "Educational institutions are putting in efforts to boost business and agriculture in schools.", "luganda": "Amatendekero g'ebyenjigiriza gateekamu amaanyi okutumbula ebyobusuubuzi n'obulimi mu masomero." }, { "english": "The University will boost education in Northern Uganda.", "luganda": "Ssetendekero ajja kulongoosa eby'enjigiriza mu bukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "Dedicate your life to serving God.", "luganda": "Waayo obulamu bwo mu kuweereza Mukama." }, { "english": "The University has branches in different countries of Africa.", "luganda": "Ssetendekero ayina amatabi mu nsi ez'enjawulo mu Africa." }, { "english": "They held a meeting in the town hall yesterday.", "luganda": "Batuuziza olukiiko mu kisenge kya town hall eggulo." }, { "english": "There is an understanding between the two Universities.", "luganda": "Waliwo okutegeeragana wakati wa zi ssetendekero ebbiri." }, { "english": "Students will gain the knowledge needed to run a business successfully.", "luganda": "Abayizi baakufuna amagezi agetaagisa okuddukanya emirimu obulungi." }, { "english": "Universities nowadays have failed to deliver employable graduates.", "luganda": "Zi ssetendekero ennaku zino ziremeredwa okufulumya abasomi abasobola okukola emirmu." }, { "english": "There will be scholarship programs for those who will excel.", "luganda": "Wajja kubaawo pulogulaamu za sikaala eri abo abanaakola obulungi." }, { "english": "Online education is suitable for working students.", "luganda": "Okusomera ku mutimbagano kulungi eri abayizi abakola." }, { "english": "Empowering of people will help in poverty reduction.", "luganda": "Okutumbula abantu kijja kuyamba okukendeeza ku bwavu." }, { "english": "The understanding will help many people access educational programs.", "luganda": "Entegeerero ejja kyakuyamba bantu bangi okufuna pulogulaamu z'okusoma." }, { "english": "They will learn about using computers.", "luganda": "Bajja kuyiga okukozesa kompyuta." }, { "english": "Banks are helping in the development of health care.", "luganda": "Amaterekero g'ensimbi gayamba mu kukulaakulanya ebyobulamu." }, { "english": "A new maternity ward is under construction at the health centre.", "luganda": "Akasenge awazaalilwa akapya kali mu kuzimbibwa ku ddwaliro." }, { "english": "The road construction is funded by using a loan from the world bank.", "luganda": "Okuzimbibwa kw'oluguudo kuvujjirirwa looni okuva mu bbanka ya world bank." }, { "english": "How long does it take to build a house?", "luganda": "Kitwala bbanga ki okuzimba enyumba?" }, { "english": "The region has only one health centre.", "luganda": "Ekitundu kirina eddwaliro limu lyokka." }, { "english": "They have failed to start the process of land clearing.", "luganda": "Balemeredwa okutandika enteekateeka z'okwerula ettaka." }, { "english": "The community has offered land for construction of the maternity ward.", "luganda": "Ekitundu kiwaddeyo ettaka okuzimba akasenge k'okuzaaliramu." }, { "english": "The contractor is charging way more high than what he estimated.", "luganda": "Kontulakita asaba ssente nyingi nnyo okusinzira ku ze yalowoza." }, { "english": "The church has donated fifty beds to the health centre.", "luganda": "Ekkanisa ettonedde eddwaliro ebitanda ataano." }, { "english": "Residents are complaining over poor quality road works.", "luganda": "Abatuuze bemulugunya ku nguudo embi." }, { "english": "The health services are accessed by people from different parts of the country.", "luganda": "Obujjanjabi bufunibwa abantu ab'enjawulo okuva mu bitundu by'egwanga eby'enjawulo." }, { "english": "Due to lack of facilities mothers are forced to move to other health centres.", "luganda": "Olw'ebbulwa ly'ebikozesebwa bamaama bakakibwa okugenda ku malwaliro amalala." }, { "english": "There is an increase in the number of patients yet the health workers are few.", "luganda": "omuwendo gw'abalwadde gweyongera kyokka abasawo batono." }, { "english": "Communities should participate in regular cleanliness drives.", "luganda": "Abantu balina okwenyigiranga mu nteekateeka z'obuyonjo." }, { "english": "Our forefathers protected the environment.", "luganda": "Ba jjajja baffe baakuuma obutonde." }, { "english": "The wildlife day is celebrated on the third of June annually.", "luganda": "Olunaku lw'ebisolo lukuzibwa nga ssatu ogw'omukaaga buli mwaka." }, { "english": "It is important to preserve and conserve nature and wildlife.", "luganda": "Kya mugaso okukuuma n'okulabirira obutonde n'obulamu bw'ebisolo by'okuttale." }, { "english": "It is good to maintain healthy populations of wildlife.", "luganda": "Kirungi okukuuma obulamu bw'ebisolo by'omu nsiko." }, { "english": "More than fifty animals are killed in a year.", "luganda": "Ebisolo ebisoba mu makumi ataano bittibwa mu mwaka." }, { "english": "Tourism generates income for the country.", "luganda": "Eby'obulambuzi bireeta ssente mu ggwanga." }, { "english": "National parks protect places of natural beauty.", "luganda": "Amakuumiro g'ebisolo by'omu ttale gakuuma ebifo mu bulungi bwabyo obw'obutonde." }, { "english": "The protected places are limited to the public.", "luganda": "Ebifo ebikumibwa tebikirizibwamu nnyo bantu." }, { "english": "Their role is to strengthen wildlife conservation.", "luganda": "Omulimi gwabwe gwa kunyweza nkuuma y'ebisolo by'omu nsiko." }, { "english": "The high court has issued a warrant of arrest for the said poachers.", "luganda": "Kkooti enkulu efulumizza ekiwandiiko ekikkiriza okukwata abayigga ebisolo by'omu nsiko." }, { "english": "Uganda is gifted by nature.", "luganda": "Uganda yaweebwa ekirabo ky'obutonde." }, { "english": "Morocco is the most visited country in Africa.", "luganda": "Morocco ly'eggwanga mu Afirika erisinga okukyalibwamu.." }, { "english": "Uganda collects a lot of income from tourism every year.", "luganda": "Uganda ekungaanya ensimbi nnyingi okuva mu by'obulambuzi buli mwaka." }, { "english": "Tourism provides employment opportunities.", "luganda": "Eby'obulambuzi bireetawo emirimu." }, { "english": "Tourism is increasing the standards of living of the people employed.", "luganda": "Eby'obulambuzi bitumbula omutindo gw'ebyobulamu obw'abantu abalina emirimu." }, { "english": "Tourism is now the fastest growing in Africa.", "luganda": "Obulambuzi kati bwe businga okukula ku ssemazinga wa Africa." }, { "english": "Government is urged to allocate more funds in tourism.", "luganda": "Gavumenti esabiddwa okwongera okuvujjirira eby'obulambuzi." }, { "english": "The district leader urged the government to develop other tourist sites.", "luganda": "Omukulembeze wa distulikiti asabye gavumenti okukulaakulanya ebifo ebirala eby'obulambuzi." }, { "english": "Tourism generates jobs directly through hotels restaurants and taxis.", "luganda": "Eby'obulambuzi bitondawo emirimu butereevu okuyita mu woteeri ebirabo by'emmere ne takisi." }, { "english": "There is an illegal capturing of wild animals.", "luganda": "Waliwo okukwata kw'ebisolo by'omu ttale okutakkirizibwa." }, { "english": "There is an increase in wildlife animals every year.", "luganda": "Ebisolo by'omu nsiko byeyongera obungi buli mwaka." }, { "english": "There is an increase in the number of white rhinos.", "luganda": "Walwo okweyongera kw'omuwendo gw'envubu enjeru." }, { "english": "Police shot a student during the teachers' strike.", "luganda": "Poliisi yakuba omwana essasi mu kwekalakaasa kw'abasomesa." }, { "english": "Police will cater for all the medical expenses.", "luganda": "Poliisi ejja kusasulira ensaasaanya yonna mu ddwaliro." }, { "english": "When is a police officer allowed to shoot?", "luganda": "Ddi omuserikale lwakkirizibwa okukuba essasi?" }, { "english": "The shooting happened in the evening when the students were playing football.", "luganda": "Okuba amasasi kwaliwo kawungeezi ng'abayizi bazannya mupiira." }, { "english": "The police will make sure the injured people get proper treatment.", "luganda": "Poliisi ejja kukakasa nti abakoseddwa bafuna obujjanjabi obutuukiridde." }, { "english": "The police officers visited the bedridden boy at the hospital.", "luganda": "Abakungu ba poliisi bakyalidde omulenzi ali ku kitanda mu ddwaliro." }, { "english": "A suspect has been charged in the Monday evening shooting.", "luganda": "Ateeberezebwa avunaaniddwa mu kukuba kw'amasasi ku lunaku lwa Mande." }, { "english": "The officer claimed the shooting was accidental.", "luganda": "Omusirikale yalumirizza nti okukuba amasasi kwabadde kwa mu butanwa." }, { "english": "The injured student was transferred to the regional main hospital for treatment.", "luganda": "Omuyizi eyakoseddwa yatwalidwa mu ddwaliro ekkulu ery'omukitundu okujjanjabibwa." }, { "english": "The most difficult things a parent can face is when your child is hurt.", "luganda": "Ekintu ekisinga obuzibu omuzadde ky'asobola okusanga ke kaseera omwanawo alumiziddwa." }, { "english": "By the time he was taken to the hospital he had lost a lot of blood.", "luganda": "We baamutwalidde mu ddwaliro yabadde avuddemu omusaayi mungi." }, { "english": "The boy has been sick two weeks ago and is still undergoing malaria treatment.", "luganda": "Omulenzi abadde mulwadde okumala eddaaza bbiri emabega nakati akyajjanjabibwa omusujja gw'ensiri." }, { "english": "His parents cannot afford taking care of him at the hospital.", "luganda": "Bazadde be tebasobola kumulabirira ng'ali mu ddwaliro." }, { "english": "The suspect was hurting so many people in the community.", "luganda": "Ateberezebwa yali alumya abantu bangi mu kitundu." }, { "english": "He interfered with the rights of the public.", "luganda": "Yayingirira eddembe ly'abantu." }, { "english": "Whoever uses criminal force to any woman is punished with imprisonment.", "luganda": "Buli akozesa amaanyi ag'abazzi b'emisango ku bakyala wa kubonerezebwa na kkomera." }, { "english": "Parents of the injured boy understood the circumstance at which their son was shot.", "luganda": "Abazadde b'omulenzi alumizibwa baategedde embeera ki mutabani waabwe mwe yakubibwa essasi." }, { "english": "The officer has been placed on administrative leave.", "luganda": "Omukungu aweereddwa oluwummula." }, { "english": "The international organization is giving free books to pupils in the refugee camps schools.", "luganda": "Ekitongole ky'ensi yonna kiri mukuwa abayizi b'omu masomero g'omu nkambi z'abanoonyiboobubudamu ebitabo ku bwereere." }, { "english": "The scholastic materials will be supplied to four schools in the northern region.", "luganda": "Ebikozesebwa mu masomero bijja kugabanyizibwa mu masomero ana mu bitundu by'obukiikakkono." }, { "english": "Six other schools from that region will also benefit from the project.", "luganda": "Amasomero amalala mukaaga okuva mu kitundu ekyo gajja kuganyulwa mu pulojekiti." }, { "english": "The distribution of these scholastic materials will begin next week on Tuesday.", "luganda": "Ensaasaanya y'ebikozesebwa mu masomero ejja kutandika ssabbiiti ejja ku lw'okubiri." }, { "english": "The organization has used huge sums of money to buy these materials.", "luganda": "Ekitongole kikozeseza ssente nnyingi okugula ebintu bino." }, { "english": "That will be a way of motivating young children to continue with their studies.", "luganda": "Eyo ejja kuba ngeri y'okuzaamu abaana abato amaanyi okweyongera mu maaso n'emisomo gyabwe." }, { "english": "With the help of these materials children will attend school every day.", "luganda": "N'obuyambi bw'ebikozesebwa bino abaana bajja kugenda ku ssomero buli lunaku." }, { "english": "An educated woman has the skills to be a better worker.", "luganda": "Omukyala omuyigirize ayina obukugu okubeera omukozi asingako." }, { "english": "Children do better at school when their parents are involved in their academic lives.", "luganda": "Abaana bakola bulungi nnyo ku ssomero singa abazadde baabwe bwe beetaba mu bulamu bwabwe obw'okusoma." }, { "english": "The district is supporting education to children in refugee communities.", "luganda": "Disitulikiti eri mu kuyamba ku by'enjigiriza y'abaana mu bitundu by'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "There is economic competition over scarce resources.", "luganda": "Waliwo okuvuganya kw'ebyenfuna ku bikozesebwa eby'ebbula." }, { "english": "Some parents don't feel the importance of education.", "luganda": "Abazadde abamu tebamanyi mugaso gwa kusoma." }, { "english": "The parents are grateful for the support given to the children by the organisation.", "luganda": "Abazadde basiimu nnyo olw'obuyambi okuva mu kitongole obuwereddwa abaana." }, { "english": "Parents should encourage their children to read more.", "luganda": "Abazadde bateekeddwa okukubiriza abaana baabwe okusoma ennyo." }, { "english": "The town is full of shops selling clothes.", "luganda": "Ekibuga kijjudde amadduuka agatunda engoye." }, { "english": "There is a competition between shops selling new clothes and second-hand clothes.", "luganda": "Waliwo okuvuganya wakati w'amadduuka agatunda engoye empya n'engoye ezambaddwamu." }, { "english": "It's healthier to put on new clothes than second-hand clothes.", "luganda": "Kya bulamu nnyo okuteekako engoye empya okusinga enyambalemu." }, { "english": "Second-hand clothes are cheaper.", "luganda": "Engoye enyambalemu za layisi." }, { "english": "A swimmer was disqualified from the race for how their swimsuit fitted their bodies.", "luganda": "Omuwuzi yagibwa mu lwokaano olw'engeri by'awugirwamu gye byakwata omubiri ggwe." }, { "english": "Shops with wedding attires have been opened in their village towns.", "luganda": "Amadduuka agayina engoye z'embaga gaguddwawo mu bibuga by'oku kyalo kyabwe." }, { "english": "These shops also sell office clothes and other accessories.", "luganda": "Amadduuka gano era gatunda engoye za yafesi n'ebintu ebirala." }, { "english": "The shops basically deal with women's wear.", "luganda": "Amadduuka okusingira ddala gakwasaganya ngoye z'abakyala." }, { "english": "There is a fashion show to launch these clothes in the town hall.", "luganda": "Waliwo omwoleso gw'emisono okutongoza engoye zino mu kisenge kya town hall." }, { "english": "There will be a lot of eats drinks and entertainment.", "luganda": "Wajja kubaawo eby'okulya eby'okunwya bingi n'ebisanyusa." }, { "english": "Women interested in participating in the fashion show should register with the woman leader.", "luganda": "Abakyala abaagala okwetaba mu mwolese gw'emisono bateekeddwa okwewandiisa n'omukulembeze w'abakyala." }, { "english": "Farmers should be careful about what their animals eat in the dry season.", "luganda": "Abalimi balina okubeera abeegendereza ku ki ebisolo byabwe kye birya mu kiseera ky'ekyeeya." }, { "english": "Because of feed poisoning animals may go down and die suddenly.", "luganda": "Olw'okuteeka obutwa mu by'okulya ebisolo biyinza okukogga n'oluvannyuma ne bifa." }, { "english": "There is a shortage of pasture for the cattle during the dry season.", "luganda": "Waliwo ebbula ly'omuddo gw'ente mu kiseera ky'ekyeya." }, { "english": "During the dry season it is expensive to feed livestock.", "luganda": "Mu biseera by'ekyeya kya buseere okuliisa ebisolo." }, { "english": "The municipality leaders have failed to plan for the district.", "luganda": "Abakulembeze ba Munisipaali balemereddwa okuteekateekera disitulikiti." }, { "english": "The district should be transparent in service provision.", "luganda": "Disitulikiti eteekeddwa okuba enneerufu mu kuwa obuweereza." }, { "english": "The town clerk should show transparency when administering duties.", "luganda": "Omukungu avunaanyizibwa ku biwandiiko alina okulaga obwerufu ng'akola emirimu." }, { "english": "People should bring receipts to make follow-ups.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okuleeta lisiiti okukola okugobererwa." }, { "english": "There is a lot of corruption in Arua district.", "luganda": "Waliwo obuli bw'enguzi bungi mu disitulikiti ya Arua." }, { "english": "People involved in corruption will be charged according to the law.", "luganda": "Abantu abeenyigira mu buli bw'enguzi bajja kuvunaanibwa ng'amateeka bwe galagira." }, { "english": "People use government projects for their own gain.", "luganda": "Abantu bakozesa pulojekiti za gavumenti okufunamu ebyabwe." }, { "english": "The anti-corruption unit arrested several people.", "luganda": "Akabinja akalwanyisa obuli bw'enguzi kaggalidde abantu bangi." }, { "english": "People should uphold the ethics of public administration.", "luganda": "Abantu bayina okusitula enneeyisa y'okuweereza abantu." }, { "english": "The district chairman of Arua is incompetent.", "luganda": "Omukulu wa disitulikiti ya Arua talina busobozi." }, { "english": "The government has provided income to the refugees to engage in Agricultural production.", "luganda": "Gavumenti ewadde abanoonyiboobubudamu ensimbi okwenyigira mu byobulimi." }, { "english": "The government should properly plan for the refugees.", "luganda": "Gavumenti eteekeddwa okutegekera obulungi abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "The government has provided funds for accommodating the refugees.", "luganda": "Gavumenti ewaddeyo obuyambi okubeezaawo abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "Refugee leaders have been involved in the planning process.", "luganda": "Abakulembeze b'abanoonyiboobubudamu beetabye mu nkola z'okuteekateka." }, { "english": "Government has provided refugees with beans and cassava seeds to engage in Agricultural production.", "luganda": "Gavumenti ewadde abanoonyiboobubudamu ensigo z'ebijanjalo ne mawongo okwenyigira mu byobulimi." }, { "english": "Farmers have been equipped with skills and knowledge to manage farming activities.", "luganda": "Abalimi baweereddwa obukugu n'amagezi mu kukwasaganya emirimu gy'obulimi." }, { "english": "The Ministry of Agriculture will verify and supply planting materials.", "luganda": "Minisitule y'eby'obulimi n'obulunzi ejja kukakasa n'okugaba ebikozesebwa mu kusimba." }, { "english": "The government aims at improving the livelihoods of refugees.", "luganda": "Gavumenti egenderera okulongoosa obulamu bwa banoonyiboobubudamu." }, { "english": "Wetlands should not be destroyed.", "luganda": "Entobazi tezirina kusaanyizibwawo." }, { "english": "Government has provided funds to support refugee farmers and vocational skills for the refugees.", "luganda": "Gavumenti ewaddeyo ensimbi okuyamba abanoonyiboobubudamu abalimirunda n'obukugu mu by'emikono eby'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "The local people are optimistic about hosting the refugee communities.", "luganda": "Abantu b'ekitundu basuubira birungi mu kusenza abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "The ministry of agriculture should provide refugees with the best seed varieties.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulimi n'obulunzi eteekeddwa okuwa abanoonyiboobubudamu ensigo ez'enjawulo ennungi." }, { "english": "The refugees should engage in agriculture to get something to eat.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu bateekeddwa okwenyigira mu bulimi n'obulunzi okufuna eky'okulya." }, { "english": "The government has provided ten kilograms of maize to each person.", "luganda": "Gavumenti ewadde buli muntu kilo kkumi eza kasooli." }, { "english": "The government should try to maintain the amount of food supply towards refugees.", "luganda": "Gavumenti eteekeddwa okugezaako okukuuma omuwendo gw'emmere gw'esaasaanya eri abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "Refugees do not have enough food to sustain their lives.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu tebalina mmere emala kubeezaawo bulamu bwabwe." }, { "english": "Are you an orphan?", "luganda": "Oli mulekwa?" }, { "english": "The government needs to provide enough water for domestic use and agricultural purposes.", "luganda": "Gavumenti yetaaga okuwa amazzi agamala okukozesebwa awaka ne mu nsonga z'obulimi n'obulunzi" }, { "english": "The government will provide farmers with drought-resistant crops.", "luganda": "Gvaumenti ejja kuwa abalimi ebirime ebitakosebwa kyeeya." }, { "english": "Teachers in Arua lack the competence to provide education services.", "luganda": "Abasomesa mu Arua tebalina maanyi kuwa buweereza bw'ebyenjigiriza." }, { "english": "Students in primary schools are not performing very well.", "luganda": "Abayizi mu masomero ga pulayimale tebakola bulungi nnyo." }, { "english": "Teachers have failed to come up with the necessary mechanisms to improve education services.", "luganda": "Abasomesa balemeddwa okujja n'enkola ez'etagisa okutumbula obuweereza bw'ebyenjigiriza." }, { "english": "Teachers equipped students with skills and knowledge.", "luganda": "Abasomesa baawa abayizi obukugu n'okumanya." }, { "english": "People need to be educated about the significance of education.", "luganda": "Abantu beetaga okusomesebwa ku bulungi bw'okusoma." }, { "english": "Teachers should be committed to working to improve the quality of education.", "luganda": "Abasomesa bateekeddwa okwewaayo okukola okulongoosa omutindo gw'ebyenjigiriza." }, { "english": "The leaders informed teachers to ensure career guidance and lesson planning.", "luganda": "Abakulembeze baategeeza abasomesa okufaayo ku kulambika abayizi ku mirimu n'okuteekateeka entabula y'essomo." }, { "english": "Leaders and school management should work together to achieve good performance.", "luganda": "Abakulembeze n'akakiiko okaddukanya essomero bateekeddwa okukolera awamu okufuna enkola ennungi." }, { "english": "Children should be well fed to be attentive in class.", "luganda": "Abaana bateekeddwa okuliisibwa obulungi okussaayo omwoyo mu kibiina." }, { "english": "The schools should provide pupils with something to eat.", "luganda": "Amasomero gateekeddwa okuwa abayizi ekyokulya." }, { "english": "Some schools failed to produce a single first grade.", "luganda": "Amasomero agamu gaalemererwa okufulumya omuyizi n'omu ayitidde mu ddala erisooka." }, { "english": "The schools should involve parents and learners in the planning process.", "luganda": "Amasomero gateekeddwa okuteeka abazadde n'abayizi mu nkola y'okuteekateeka." }, { "english": "The parents should directly get involved in the learner's performances.", "luganda": "Abazadde bateekeddwa okwetaba butereevu mu nkola y'abayizi." }, { "english": "Students should be sensitized about the significance of education in their lives.", "luganda": "Abayizi balina okumanyisibwa ku mugaso gw'okusoma mu bulamu bwabwe." }, { "english": "The district officials look at providing enough food and quality education.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti batunuulira kubaga emmere emala n'okusoma okw'omutindo." }, { "english": "The district has transferred inconsistent teachers from the district.", "luganda": "Disitulikiti eggye abasomesa abakola obubi mu disitulikiti." }, { "english": "The parliamentarian was charged with unlawful disappearance from police custody.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti yavunaaniddwa ogw'okuva mu kaduukulu ka poliisi nga tagoberedde mateeka." }, { "english": "The parliamentarian was charged after being arrested.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti yavunaaniddwa oluvannyuma lw'okukwatibwa." }, { "english": "Various people were arrested after stoning the presidential motorcade.", "luganda": "Abantu ab'enjawulo baakwatibwa oluvannyuma lw'okukuba amayinza emmotoka za pulezidenti." }, { "english": "The police should handle citizens with care.", "luganda": "Poliisi erina okukwata abatuuze n'obwegendereza." }, { "english": "The policemen arrested the member of parliament.", "luganda": "Owa poliisi yakutte omubaka wa paalamenti." }, { "english": "The parliamentarian will be charged in the courts of law.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti ajja kuvunaanibwa mu mbuga z'amateeka." }, { "english": "People were informed to provide security for the members of parliament.", "luganda": "Abantu baategezebwa okuwa ababaka ba paalamenti obukuumi." }, { "english": "The court should grant the parliamentarian a court bail.", "luganda": "Kkooti eteekeddwa okuwa omubaka wa paalamenti akakalu ka kkooti." }, { "english": "The parliamentarian was charged and tried in Arua.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti yavunaanibwa era n'agezesebwa mu Arua." }, { "english": "The parliamentarian pleaded not guilty before the chief magistrate's court.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti yeewozaako obutaba na musango mu maaso g'omulamuzi wa kkooti enkulu." }, { "english": "The member of parliament was granted a non-cash bail of fifty million.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti yateebwa ku kakalu k'obukadde ataano ez'obutaliiwo." }, { "english": "The prosecutor advocated for strict bail terms.", "luganda": "Omuwaabi yasabye akakalu akalimu obukwakkulizo obukakali." }, { "english": "The judge adjourned the case to another date.", "luganda": "Omulamuzi yayimirizza okuwulira omusango okutuuka olunaku olulala." }, { "english": "Arua taxi park will become irrelevant if there is consistency in shortage of power.", "luganda": "Ppaaka ya Arua tejja kuba na mugaso singa enaagenda mu maaso nga teba na masannyalaze." }, { "english": "Taxi operators should create cooperative unions.", "luganda": "Abavuzi ba takisi bateekeddwa okutondawo ebibiina by'obwegassi." }, { "english": "The deputy prime minister chaired the commissioning of Arua taxi park.", "luganda": "Amyuka Katikkiro yakuulidde okuggulawo kwa paaka ya takisi eya Arua." }, { "english": "The government constructed Arua taxi park.", "luganda": "Gavumenti yazimba paaka ya takisi eya Arua." }, { "english": "The government bought generators to increase power generation in the area.", "luganda": "Gavumenti yagula genereeta okwongera ku bungi bw'amasannyalaze mu kitundu." }, { "english": "The taxi park however depends on enough supply of electric power.", "luganda": "Paaka ya takisi n'olwekyo yeesigama ku masannyalaze agamala." }, { "english": "The government will increase power generation from Karuma dam.", "luganda": "Gvaumenti ejja kwongeza ku nfulumya y'amasannyalaze okuva ku bbibiro lry'e Karuma." }, { "english": "The people of Arua will have power problems for the next two years.", "luganda": "Abantu ba Arua bajja kuba n'obuzibu bw'amasannyalaze mu myaka ebiri egiddako." }, { "english": "More houses in West Nile will be connected to electricity.", "luganda": "Amayumba amalala mu bugwanjuba bwa Nile gajja kuyungibwamu amasannyalaze." }, { "english": "The taxi park will increase mobility in the transport business.", "luganda": "Paaka ya takisi ejja kwongera ku bwangu bw'entambula mu mulimu gw'entambula." }, { "english": "The taxi park will employ the people of Arua.", "luganda": "Paaka ya takisi ejja kuwa abantu ba Arua emirimu." }, { "english": "The taxi park is very conducive for carrying out business activities.", "luganda": "Paaka ya takisi nnungi nnyo okukoleramu emirimu." }, { "english": "People will increase their cash inflow.", "luganda": "Abantu bajja kwongeza ku nnyingiza y'ensimbi zaabwe." }, { "english": "Arua taxi park is an ideal place for the market.", "luganda": "Paaka ya takisi eya Arua kifo kirungi ku katale." }, { "english": "The government will construct three bridges in Arua.", "luganda": "Gavumenti ejja kuzimba entindo ssatu mu Arua." }, { "english": "Standing bridges will collapse at any time.", "luganda": "Entindo eziyimiridde zijja kugwa akaseera konna." }, { "english": "Some bridges were made of timber.", "luganda": "Entindo ezimu zaakolebwa mu mbaawo." }, { "english": "Uganda national roads authority will be in charge of the construction.", "luganda": "Ekitongole kya Uganda National roads authority kijja kuba n'obuvunaanyizibwa bw'okuzimba." }, { "english": "Bridge construction will take three years.", "luganda": "Okuzimba olutindo kujja kutwala emyaka essatu." }, { "english": "Uganda national roads authority has the veto powers in the construction of the bridges.", "luganda": "Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu Uganda kirina obuyinza obwenkomeredde ku kuzimba entindo." }, { "english": "The construction company should work together with the roads authority.", "luganda": "Kampuni ezimba eteekeddwa okukolera awamu n'abobuyinza ku nguudo." }, { "english": "The company will construct bridges with a lifespan of one hundred twenty years.", "luganda": "Kampuni ejja kuzimba entindo ezigenda okuwangaala emyaka kikumi mu abiri." }, { "english": "The authority gave the project a lifespan of three years.", "luganda": "Ab'obuyinza baawa pulojekiti ebbanga ly'obuwangaazi lya myaka esatu." }, { "english": "Roads in Arua will be tarmacked.", "luganda": "Enguudo mu Arua zijja kuyiibwa kkolansi." }, { "english": "Local people will provide labour for construction companies.", "luganda": "Abatuuze bajja kukolera kkampuni ezizimba." }, { "english": "District leaders explained that construction should be effective and efficient.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti bannyonnyola nti okuzimba kulina okukolebwa bulungi era mu bwangu." }, { "english": "There should be proper accountability for the project funds.", "luganda": "Wateekeddwa okubaawo embalirira ennungi ku ssente za pulojekiti." }, { "english": "Many people lost their lives over the bridge.", "luganda": "Abantu bangi baafiirwa obulamu bwabwe ku lutindo." }, { "english": "The people were unable to transport food because the bridge collapsed.", "luganda": "Abantu tebaasobola kutambuza mmere kubanga olutindo lwayonooneka." }, { "english": "People are excited about the construction of the new bridge.", "luganda": "Abantu basanyufu ku kuzimba olutindo olupya." }, { "english": "There are floods in Arua district.", "luganda": "Waliyo amataba mu disitulikiti ya Arua." }, { "english": "Officials in Arua desire for the return of rhinos in Ajai game reserve.", "luganda": "Abakungu mu Arua baagala okukomezebwawo kw'enkula mu kkuumiro lya Ajai." }, { "english": "There is poaching in the game parks.", "luganda": "Waliwo okuyigga ebisolo okutali mu mateeka mu makuumiro g'ebisolo." }, { "english": "Officials need rhinos to restore the image of Arua district.", "luganda": "Abakungu beetaga enkula okuzzaawo ekifaananyi kya disitulikiti ya Arua." }, { "english": "The government has gazetted game parks and reserves to protect and keep wild animals.", "luganda": "Gavumenti yeddiza obuyinza ku makuumiro g'ebisolo okukuuma n'okutaasa ebisolo by'omu nsiko." }, { "english": "The government has discouraged poaching in the country by putting up strict laws.", "luganda": "Gavumenti eremesezza okuyigga ebisolo okutali mu mateeka nga essaawo amateeka amakakali." }, { "english": "The district officials want to promote local tourism among the people.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti baagala kutumbula obulambuzi bwa kuno mu bantu." }, { "english": "The officials want to increase the local revenue in the district treasury.", "luganda": "Abakungu baagala okwongera ku musolo gwa kuno mu ggwanika lya disitulikiti." }, { "english": "The wildlife conservation quiz will take place at Arua public primary school.", "luganda": "Okubuuzibwa n'okwanukula ebibuuzo ku kukuuma ebisolo kujja kuba ku Arua public primary school." }, { "english": "The officials have sensitized people to conserve wildlife.", "luganda": "Abakungu babuulidde abantu okukuuma ebisolo by'omu nsiko." }, { "english": "Wildlife brings in foreign income.", "luganda": "Ebisolo by'omu nsiko bireeta ssente okuva ebweru." }, { "english": "Uganda is gifted with lakes and rivers forests and mountains.", "luganda": "Uganda erina ennyanja emigga ebibira n'ensozi." }, { "english": "The officials want to market the beautiful scenes of West Nile.", "luganda": "Abankungu baagala kutunda obulungi bwa West Nile." }, { "english": "Uganda is gifted with several species in animals.", "luganda": "Uganda erina ebika by'ebisolo eby'enjawulo." }, { "english": "The president will be the guest of honour at the ceremony.", "luganda": "Pulezidenti y'ajja okuba omugenyi omukulu ku mukolo." }, { "english": "There will be free blood screening on that day.", "luganda": "Wajja kubaawo okukebera omusaayi okw'obwereere ku lunaku olwo." }, { "english": "Good quality roads were constructed in the area.", "luganda": "Enguudo ennungi zaazimbibwa mu kitundu." }, { "english": "There is access to banks hospitals and markets.", "luganda": "Waliwo obwanguyirwa mu kutuuka mu bbanka amasomero n'obutale." }, { "english": "There is a dramatic change in the appearance of the town.", "luganda": "Waliwo ekyukakyuka y'amaanyi mu ndabika y'ekibuga." }, { "english": "Solar street lights are cheaper to install and operate since they generate their own power.", "luganda": "Amataala g'oku nguudo agakozesa amaanyi g'enjuba ga layisi okussaawo n'okukuzesa kubanga geekolera amasannyalaze gaago." }, { "english": "It was the grand opening of the new taxi park.", "luganda": "Kwe kwali okuggulawo ppaaka ya ttakisi empya mu butongole." }, { "english": "The park is one of the new developments in the region.", "luganda": "Ppaaka y'emu ku nkulaakulana empya mu kitundu." }, { "english": "Street vendors cause traffic congestion and inadequate hygiene and poor waste disposal.", "luganda": "Abasuubuzi b'oku nguudo baleeta omugotteko gw'ebidduka obukyafu n'okusuulasuula kasasiro." }, { "english": "The lorries will park outside the taxi park.", "luganda": "Loole zijja kusimba wabweru wa ppaaka." }, { "english": "The delay in funds leads to inappropriate planning.", "luganda": "Okulwawo kw'obuyambi kireetera enteekateeka embi." }, { "english": "The district leader refuted the allegations against the city.", "luganda": "Omukulembeze wa disitulikiti yakakasa obufu bw'ebyogerebwa ku kibuga." }, { "english": "The district has received funds from different projects since last year.", "luganda": "Disitulikiti efunye obuyambi okuva mu pulojekiti ez'enjawulo okuva omwaka oguwedde." }, { "english": "The park will have a big shopping mall.", "luganda": "Ppaaka ejja kuba n'ekizimbe ekigulwamu ebintu ekinene." }, { "english": "The minister will be the guest of honour for the day.", "luganda": "Minisita y'ajja okuba omugenyi w'olunaku omukulu." }, { "english": "Individuals have benefited from statehouse scholarships.", "luganda": "Abantu baganyuddwa mu sikaala z'amaka g'obwa pulezidenti." }, { "english": "The two students scored first grade in the primary leaving examination.", "luganda": "Abayizi ababiri baayitira mu ddaala erisooka mu bigezo bya pulayimale eby'akamalirizo." }, { "english": "Their parents couldn't afford to pay school fees for secondary school.", "luganda": "Abazadde be baali tebasobola kusasula bisale bya ssomero lya sekendule." }, { "english": "Children in rural areas face a lot of challenges in accessing education facilities.", "luganda": "Abaana mu byalo basanga okusoomoozebwa kungi mu kusoma." }, { "english": "Medical problems cause poor performance at school.", "luganda": "Ebizibu by'enzijanjaba biviirako okukola obubi ku ssomero." }, { "english": "He urged the community to continue supporting the boys till they finish their studies.", "luganda": "Yasaba abantu okwongera okuwagira abalenzi okutuusa lwe bamaliriza emisomo gyabwe." }, { "english": "The mother of the boys was grateful for the opportunity given.", "luganda": "Maama w'abalenzi yasiima olw'omukisa ogwamuweebwa." }, { "english": "The parents cannot afford to pay school fees for the boy's secondary education.", "luganda": "Abazadde tebasobola kusasula bisale bya ssomero bya kusoma kw'omulenzi okwa sekendule." }, { "english": "The village football team lost to the visitor's team last weekend.", "luganda": "Ttiimu y'ekyalo ey'omupiira yawangulwa ttiimu engenyi ssabbiiti ewedde." }, { "english": "All the teams hold the sixth place in the table standings.", "luganda": "Tiimu zonna zikwata kifo kya mukaga ku kimeeza." }, { "english": "Proline football club is one of the best clubs in Uganda.", "luganda": "Ttiimu ya proline y'emu ku ttiimu ezisinga mu Uganda." }, { "english": "The football match ended in a draw.", "luganda": "Omupiira gwaggweredde mu maliri." }, { "english": "An organization has confirmed to inject three million shillings into women's football.", "luganda": "Ekitongole kikakasizza okuteeka obukadde busatu mu mupiira gw'abakyala." }, { "english": "It is the main national cup competition in football.", "luganda": "Kye kikopo ky'empaka z'omupiira ekikulu mu ggwanga." }, { "english": "The team was eliminated in the third round.", "luganda": "Ttiimu yaggyibwako ku mwetooloolo ogwokusatu." }, { "english": "The Ondupakara lost to Vipers during the cup finals.", "luganda": "Onduparaka yawangulwa Vipers mu mupiira gw'akamalirizo." }, { "english": "The football team failed to reach the finals despite all efforts.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira yalemeddwa okutuuka ku z'akamalirizo ng'oggyeko amaanyi gonna." }, { "english": "Vipers club will represent Uganda in the Africa cup competitions.", "luganda": "Ttiimu ya VIpers ejja kukiikirira Uganda mu mpaka za Africa." }, { "english": "The teams are to play a loser's match tomorrow.", "luganda": "Ttiimu zijja kuzajja omuzannyo gwa ttiimu ezaawanguddwa eggulo." }, { "english": "There are a lot of land grabbing cases in Uganda nowadays.", "luganda": "Waliwo emisango gy'ekibba ttaka mungi mu Uganda ennaku zino." }, { "english": "The piece of land is located near the airfield.", "luganda": "Ettaka liri kumpi n'ekisaawe ky'ennyonyi." }, { "english": "The old man wants the government to compensate him for the land it took.", "luganda": "Omusajja omukadde ayagala gavumenti emuliyirire olw'ettaka lye yatwala." }, { "english": "Police requested the family to vacate the land as early as possible.", "luganda": "Poliisi yasabye famire eve ku ttaka mu bwangu ddala." }, { "english": "We were not aware that part of our land belonged to the Airfield.", "luganda": "Twali tetumanyi nti ekitundu ku ttaka lyaffe kya kisaawe kya nnyonyi." }, { "english": "When a building is marked it's an indication that it's to be demolished.", "luganda": "Ekizimbe bwe kirambibwa kabonero akalaga nti kya kumenyebwa." }, { "english": "The government asked them to show proof of ownership of the land.", "luganda": "Gavumenti yabasaba okulaga obukakafu ku bwannannyini ku ttaka." }, { "english": "They have lived on this land since childhood.", "luganda": "Babadde ku ttaka lino okuva obuto." }, { "english": "The government has finalized plans to compensate people affected by the airport construction.", "luganda": "Gavumenti emalirizza enteekateeka z'okuliyirira abatu abaakosebwa okuzimbibwa kw'ekisaawe ky'ennyonyi." }, { "english": "The land is one of the biggest assets our grandfather left us with.", "luganda": "Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebisingira ddala jjajja waffe omukyala bye yatulekera." }, { "english": "Their father played a role in the political history of Uganda.", "luganda": "Taata waabwe yakola omulimu mu byafaayo by'ebyobufuzi bya Uganda." }, { "english": "He asked the government to at least take a few metres of the land.", "luganda": "Yasaba gavumenti waakiri ettwaleko mmita ntono ku ttaka." }, { "english": "We almost have nothing and they want to take it from us.", "luganda": "Kumpi tetulina kye tulina ate baagala kulitutwakako." }, { "english": "The government chose this land as suitable for the location of the Airfield.", "luganda": "Gavumenti yalonda ettaka lino ng'eddungi okussaako ekisaawe ky'ennyonyi." }, { "english": "The land is a remembrance of the former president of our country.", "luganda": "Ettaka kijjukizo ky'eyaliko pulezidenti w'egganga lyaffe." }, { "english": "The officials claim the land belongs to the government.", "luganda": "Abakungu bagamba nti ettaka lya gavumenti." }, { "english": "We didn't get any answers about the allegations from the police spokesperson.", "luganda": "Twetafuna kwanukulwa kwonna ku byogerebwa okuva ew'omwogezi wa poliisi." }, { "english": "The officer didn't reply even when we tried to reach him through text messages.", "luganda": "Omukungu teyaddamu ne bwe twagezaako okumutuukirira okuyita mu bubaka bw'oku ssimu." }, { "english": "The number of children suffering from eye defects is on the rise.", "luganda": "Omuwendo gw'abaana abalwala amaaso gweyongera." }, { "english": "The eye screening was conducted at one of the schools in the region.", "luganda": "Okukebera amaaso kwakolebwa mu limu ku ssomero mu kitundu." }, { "english": "Such allergies are very common in children.", "luganda": "Obuzibu ng'obwo bweyolekera nnyo mu baana." }, { "english": "Many children have minor eye problems.", "luganda": "Baana bangi balina obizibu by'amaaso obitonotono." }, { "english": "The district leaders organized an election.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti baategese okulonda." }, { "english": "They are also educating parents on how to care for their children's eyes.", "luganda": "Basomesa n'abazadde ku ndabirira y'amaaso g'abaana baabwe." }, { "english": "The teacher's who initiated the activity teach in those schools.", "luganda": "Abasomesa abaatandika omulimu basomesa mu masomero ago." }, { "english": "The organization helped in the fight against children disabilities.", "luganda": "Ekitongole kyayamba mu kulwanyisa obulemu mu baana." }, { "english": "Children with bad eyesight may be discriminated against in school.", "luganda": "Abaana abatalaba bulungi bayinza okusosolebwa mu ssomero." }, { "english": "Teachers will give extra care to children with these eye effects.", "luganda": "Abasomesa bajja kufaayo nnyo ku baana abalina obuzibu bw'amaaso buno." }, { "english": "Children with eye problems struggle to keep up with class assignments.", "luganda": "Abaana abalina ebizibu by'amaaso batawaanyizibwa okukola emirimu egibaweebwa mu kibiina." }, { "english": "The disability prevents the children from making use of some facilities.", "luganda": "Obulemu bulemesa abaana okukozesa ebintu ebimu." }, { "english": "During exams the children were given a form for written language for the blind people.", "luganda": "Mu bigezo abaana baaweebwa olupapula lw'olulimi oluwandiike olwa bamuzibe." }, { "english": "The child has only one eye.", "luganda": "Omwana alina eriiso limu lyokka." }, { "english": "They are organizing to construct a dormitory for children with disabilities.", "luganda": "Bateekateeka okuzimba ekisulo ky'abaana abaliko obulemu." }, { "english": "Government officials were arrested for diversion of funds.", "luganda": "Abakungu ba gavumenti baakwatibwa olw'okubulankanya obuyambi." }, { "english": "The school headteacher was also arrested for misusing the school development funds.", "luganda": "Omukulu w'essomero naye yakwatiddwa olw'okukozesa obubi ssente z'essomero ez'enkulaakulana." }, { "english": "Many of the cross examiner's actions were shocking and cruel.", "luganda": "Ebikolwa by'abagolozi b'ebibuuzo byali byewuunyisa era nga bya bukambwe." }, { "english": "Police are investigating the possible misuse of the money.", "luganda": "Poliisi enoonyereza ku kukozesa kw'ensimbi kwonna okubi." }, { "english": "The funds were meant to improve infrastructure in the region.", "luganda": "Ensimbi zaali ziteekeddwa kutumbula bintu ebigasiza abantu awamu mu kitundu." }, { "english": "Officials have collected evidence to prove the misuse of funds.", "luganda": "Abakungu bakungaanyizza obujulizi okukakasa okukozesa obubi obuyambi." }, { "english": "Inspectors went on to inspect the standards of the roads constructed.", "luganda": "Abalondoola baagenda mu maaso okulondoola omutindo gw'enguudo ezaazimbibwa." }, { "english": "The school headteacher and bursar were arrested on fraud allegations.", "luganda": "Omukulu w'essomero ne bbaasa baakwatibwa ku by'obufere ebyogerebwa." }, { "english": "There were complaints around the town about the bad roads.", "luganda": "Waaliwo okwemulugunya okwetooloola ekibuga ku nguudo embi." }, { "english": "The demotion followed an investigation of neglect of duty at night.", "luganda": "Okussibwa eddaala kwava ku kunoonyereza kw'okusuulawo obuvunaanyizibwa ekiro." }, { "english": "The senior opposition leader was arrested while leading a march to opposition party headquarters.", "luganda": "Omukulembeze kayingo ow'oludda oluvuganya gavumenti yakwatiddwa ng'akulembeddemu okutambula okugenda ku kitebe ky'ekibiina ekikulu." }, { "english": "The officers were attached to Arua police station.", "luganda": "Abakungu baalina akakwate ku poliisi ya Arua." }, { "english": "They were demoted from their ranks.", "luganda": "Bassibwa amadaala." }, { "english": "The officer was accused of the negligence of his duties.", "luganda": "Omukungu yavunaanibwa okusuulirira emirimu gye." }, { "english": "One of the officers was proved innocent by the disciplinary court.", "luganda": "Omu ku bakungu yakakasibwa nga talina musango mu kkooti ekwasisa empisa." }, { "english": "The police disciplinary committee settled this dispute.", "luganda": "Akakiiko ka poliisi akakwasisa empisa kaamalawo obutakkaanya." }, { "english": "They were found guilty of not providing security for the president.", "luganda": "Baasingisibwa omusango bw'obutawa pulezidenti bukuumi." }, { "english": "They were supposed to give the president maximum protection.", "luganda": "Baali balina okuwa pulezidenti obukuumi obumala." }, { "english": "They were all given a chance to appeal to the judge.", "luganda": "Bonna baaweebwa omukisa okujulira eri omulamuzi." }, { "english": "The president's car was stoned during campaigns.", "luganda": "Emmotoka ya pulezidenti yakubibwa amayinja mu kunoonya obululu." }, { "english": "Police used tear gas on the protesters.", "luganda": "Poliisi yakozesa omukka ogubalagala ku beekalakaasi." }, { "english": "There was a heavy deployment of police in different parts of the city.", "luganda": "Waaliwo okuyiibwa kw'abapoliisi abangi mu bitundu by'ekibuga eby'enjawulo." }, { "english": "Witness fails to testify in treason case after diarrhoea attack.", "luganda": "Omujulizi alemererwa okuwa obujulizi mu musango gw'okulya mu nsi olukwe oluvannyuma lw'okulumbibwa ekiddukano." }, { "english": "Different protection units were responsible for protecting the president's convoy.", "luganda": "Ebitongole ebikuumaddembe eby'enjawulo byali bivunaanyizibwa ku kuwa oluseregende lw'emmotoka za pulezidenti obukuumi." }, { "english": "The elected leaders and other government officials are responsible for protecting the president.", "luganda": "Abakulembeze abalonde n'abakungu ba gavumenti abalala balina obuvunaanyizibwa okukuuma pulezidenti." }, { "english": "There is an increase in engineering education at higher institutions of learning.", "luganda": "Waliwo okweyongera mu kusoma obwa yinginiya ku ttendekero aga waggulu." }, { "english": "Why do fresh graduates find challenges in getting engineering jobs?", "luganda": "Lwaki abaakatikkirwa basanga obuzibu mu kufuna emirimu gy'obwa yinginiya?" }, { "english": "To become an engineer you should have completed four years of engineering practice.", "luganda": "Okufuuka yinginiya olina okuba ng'omaliriza okugezesebwa okw'emyaka ena mu bwa yinginiya." }, { "english": "There is an ongoing program of keeping the city clean.", "luganda": "Waliwo enteekateeka egenda mu maaso ey'okukuuma ekibuga nga kiyonjo." }, { "english": "To become a registered engineer you must have ten years of experience.", "luganda": "Okufuuka yingiya omuwandiise olina okuba ng'olina obumanyirivu bwa emyaka kkumi." }, { "english": "There are few engineers across the country.", "luganda": "Waliwo ba yinginiya batono okwetooloola eggwanga." }, { "english": "You must pay a membership fee of thirty thousand Ugandan shillings while registering.", "luganda": "Oteekwa okusasula ssente z'obwa mmemba emitwala gya Uganda esatu nga weewandiisa." }, { "english": "Students usually pursue engineering courses.", "luganda": "Abayizi batera okusoma koosi z'obwa yinginiya." }, { "english": "How can the younger generation be inspired?", "luganda": "Omugigi omuto guyinza kuzzibwamu gutya amaanyi?" }, { "english": "The market is under construction.", "luganda": "Akatale kazimbibwa." }, { "english": "All people in society have an opinion about what is happening.", "luganda": "Abantu bonna mu kitundu balina kye balowooza kw'ekyo ekiriwo." }, { "english": "The human resource was mobilised ahead of time.", "luganda": "Ebintu abantu bye beetaaga byanoonyezebwa ng'obudde tebunnatuuka." }, { "english": "Elections usually involve violent acts.", "luganda": "Okulonda kutera okubeeramu ebikolwa by'effujjo." }, { "english": "When will by-elections be held?", "luganda": "Okuddamu okulonda kwa ddi?" }, { "english": "Police officers can be suspended from duty.", "luganda": "Abakungu ba poliisi basobola okuwerebwa ku mulimu." }, { "english": "Officers should not neglect their duties.", "luganda": "Abakungu tebalina kusuulirira mirimu gyabwe." }, { "english": "Who is the commissioner of police?", "luganda": "Ani mukungu wa poliisi?" }, { "english": "Police officers have to follow commands as given by their superiors.", "luganda": "Abakungu ba poliisi balina okugoberera ebiragiro ebibaweebwa ababakulira." }, { "english": "Police officers that decline to take orders are punished.", "luganda": "Abapoliisi abaagaanye okutwala ebiragiro bakangavvuddwa." }, { "english": "The commander in the field is the one who controls the others.", "luganda": "Omuduumizi ali mu kisaawa y'alambika abalala." }, { "english": "How do police officers communicate while in the field?", "luganda": "Abapoliisi bawuliziganya batya nga bali mu kisaawe." }, { "english": "A crowd is a large number of people gathered together in a disorganised way.", "luganda": "Ebbiina be bantu abangi abakungaana mu ngeri etali nteeketeeke." }, { "english": "Disappointments are very painful.", "luganda": "Okuyiibwa kiruma nnyo." }, { "english": "Police officers need to act professionally when executing their duties.", "luganda": "Abapoliisi balina okweyisa bulungi nga bakola emirimu gyabwe." }, { "english": "It is okay to stand firm at your decision.", "luganda": "Kirungi okunwerera ku kusalawo kwo." }, { "english": "Be mindful of other people's lives.", "luganda": "Faayo ku bulamu bw'abantu abalala." }, { "english": "The police were deployed to calm the riot.", "luganda": "Poliisi yayiibwa okukkakkanya ekeegugungo." }, { "english": "Is it true that cancer is incurable?", "luganda": "Kituufu nti kkookolo tajjanjabibwa?" }, { "english": "Health services should be accessible to everyone.", "luganda": "Obujjanjabi bulina okufunibwa buli omu." }, { "english": "What does the cancer machine do on the cancer patient?", "luganda": "Ekyuma kya kkookolo kikola ki ku mulwadde wa kkooko?" }, { "english": "What do we find in the first aid kit?", "luganda": "Akasanduuko k'obujjanjabi obusookerwako kabaamu ki?" }, { "english": "Cancer can affect different parts of the body.", "luganda": "Kkookolo ayinza okukosa ebitundu by'omubiri eby'enjawulo." }, { "english": "Cancer can be treated.", "luganda": "Kkookolo asobola okujjanjabibwa." }, { "english": "What do medical engineers do?", "luganda": "Abasawo bakola ki?" }, { "english": "Doctors treat patients in the hospital.", "luganda": "Abasawo bajjanjaba abalwadde mu ddwaliro." }, { "english": "Cancer patients visit cancer centres.", "luganda": "Abalwadde ba kkookolo bgenda mu bifo ewajjanjabirwa kkookolo." }, { "english": "Private maternity wards are usually expensive.", "luganda": "Ebifo ewazaalirwa eby'obwannannyini bitera okuba eby'obuseere." }, { "english": "What is our final plan?", "luganda": "Enteekateeka yaffe ey'enkomeredde eri ki?" }, { "english": "Of late many people have cancer in Uganda.", "luganda": "Gye buvuddeko abantu bangi balina kkookolo mu Uganda." }, { "english": "Every district should have a referral hospital.", "luganda": "Buli disitulikiti erina okubeera n'eddwaliro ekkulu." }, { "english": "One can either be tested negative or positive for cancer.", "luganda": "Omuntu ali okubeera ne kkookolo oba nga tamulina." }, { "english": "How can we fight against cancer?", "luganda": "Tuyinza kulwanyisa tutya kkookolo?" }, { "english": "Cancer patients need better treatment.", "luganda": "Abalwadde ba kkookolo beetaaga obujjanjabi obulungi." }, { "english": "We need more hospitals that can treat cancer.", "luganda": "Twetaaga amalwaliro amalala agasobola okujjanjaba kkookolo." }, { "english": "How many regions are found in Uganda?", "luganda": "Bitundu bimeka ebisangibwa mu Uganda?" }, { "english": "Leaders have the potential to transform their subordinates' lives.", "luganda": "Abakulembeze balina obusobozi okukyusa obulamu bw'abantu be bakulembera." }, { "english": "Youths are encouraged to take up leadership positions.", "luganda": "Abavubuka bakubirizibwa okutwala ebifo byobukulembeze." }, { "english": "Hotels are basically for accommodation.", "luganda": "Wooteeri okusinga za kusulamu." }, { "english": "Government has come up with programs to support the youth.", "luganda": "Gavumenti evvudeyo ne pulogulaamu okuyamba abavubuka." }, { "english": "Youth leaders must strive to develop fellow youths.", "luganda": "Abakulembeze b'abavubuka balina okulwana okukulaakulanya bavubuka bannaabwe." }, { "english": "Use every available opportunity.", "luganda": "Kozesa buli mukisa oguliwo." }, { "english": "Have the youths benefited from their leaders?", "luganda": "Abavubuka baganyuddwa mu bakulembeze baabwe?" }, { "english": "What could be the hindrances to the future development of youths?", "luganda": "Ki ekiyinza okuba omuziziko mu nkulaakulana y'abavuvuka ey'omu maaso." }, { "english": "Youths do not allow anyone to despise you.", "luganda": "Abavubuka temukkiriza muntu yenna kubayisaamu maaso." }, { "english": "Some youths are manipulated because they are naive.", "luganda": "Abavubuka abamu babakozesebwa kubanga tebasobola kwennyonnyolako." }, { "english": "Government programs should be taken seriously.", "luganda": "Enteekateeka za gavumenti zirina okutwalibwa ng'enkulu." }, { "english": "Information dissemination is to distribute information.", "luganda": "Okusaansaanya obubaka kwe kububunyisa." }, { "english": "What is the role of youth leaders?", "luganda": "Abakulembeze b'abavuvuka balina muli ki?" }, { "english": "Government programs are aimed at benefiting the public.", "luganda": "Enteekateeka za gavumenti ziruubirirwamu kuganyula bantu." }, { "english": "Water bodies support economic activities like fishing.", "luganda": "Ebifo ewasangibwa amazzi biwanirira emirimu ng'obuvubi." }, { "english": "What are the guidelines for fishers who work on the lakes in Uganda?", "luganda": "Biki ebirambika abavubi abakoera ku nnyanja mu Uganda?" }, { "english": "The Albert Nile is really wide.", "luganda": "Albert Nile mu butuufu nnene." }, { "english": "Wetlands and forests have been destroyed for settlement.", "luganda": "Entobazi n'ebibira bisaanyiziddwawo okufuna aw'okubeera." }, { "english": "Water is a necessity.", "luganda": "Amazzi kyetaago." }, { "english": "Swamps should be reserved.", "luganda": "Entobazi zirina okukuumibwa." }, { "english": "How many ports are on Lake Victoria?", "luganda": "Emyalo giri emeka ku nnyanja Nalubaale?" }, { "english": "Have you ever toured around Lake Albert?", "luganda": "Wali olambuddeko ku nnyanja Muttanzige?" }, { "english": "What are some of the water resources in Uganda?", "luganda": "Bifo ki ebimu ebisobola okuggyibwamu amazzi mu Uganda?" }, { "english": "In most cases the chief guest must give a speech on the event.", "luganda": "Ebiseera ebisinga omugenyi omukulu alina okwogera ku mukolo." }, { "english": "Why is it commonly said that water is life?", "luganda": "Lwaki kyogerebwa nnyo nti amazzi bwe bulamu?" }, { "english": "There are many rivers in Uganda.", "luganda": "Waliwo emigga mingi mu Uganda." }, { "english": "Where do police officers take commands from?", "luganda": "Abapoliisi ebiragiro babiggya wa?" }, { "english": "The president must be given protection.", "luganda": "Pulezidenti ateekeddwa okuweebwa obukuumi." }, { "english": "Politicians are allowed to hold political campaigns.", "luganda": "Bannabyabufuzi bakkirizibwa okutuuza enkungana z'ebyobufuzi." }, { "english": "Describe the importance of the church in the community.", "luganda": "Nnyonyola omugaso gw'ekkanisa mu kitundu." }, { "english": "The traffic department is concerned with the movement of cars on the road.", "luganda": "Ekitongole ky'ebidduka ku nguudo kivunaanyizibwa ku ntambula y'emmotoka ku luguudo." }, { "english": "The president can visit anywhere he wants.", "luganda": "Pulezidenti asobola okukyala wonna w'ayagala." }, { "english": "What does the inspector general do?", "luganda": "Omuduumizi wa poliisi ow'oku ntikko akola ki?" }, { "english": "What is the neglect of duty according to the police?", "luganda": "Okusuulirira omulimu kye ki okusinziira ku poliisi?" }, { "english": "Campaigns are sometimes chaotic.", "luganda": "Okunoonya obululu ebiseera ebimu kubaamu akavuyo." }, { "english": "It is not good to always disregard other people's opinion.", "luganda": "Si kirungi bulijjo obutafaayo ku ndowooza z'abalala." }, { "english": "Politicians hold political rallies.", "luganda": "Bannabyabufuzi bakuba enkugaana z'ebyobufuzi." }, { "english": "Why would a road be blocked?", "luganda": "Lwaki oluguudo lwandibadde luggalwa?" }, { "english": "What does the crime intelligence officer have to do?", "luganda": "Omunoonyereza ku misango alina kukola ki?" }, { "english": "Police investigators are everywhere.", "luganda": "Abanoonyereza ba poliisi bali buli wamu." }, { "english": "Are chaos events a concern to the police?", "luganda": "Ebikolwa by'obuvuyo bikwata ku poliisi?" }, { "english": "The president travels in a convoy.", "luganda": "Pulezidenti atambulira mu luseregende lw'emmotoka." }, { "english": "Most police officers stay in the barracks.", "luganda": "Abapoliisi abasinga babeera mu nkambi." }, { "english": "Time waits for no man.", "luganda": "Obudde tebulinda." }, { "english": "The next football match shall be held in the stadium.", "luganda": "Omuzannyo oguddako gujja kubeera mu kisaawe." }, { "english": "By the end of the second half of the game we had won.", "luganda": "Ku nkomerero y'ekitundu ky'omuzannyo ekyokubiri twali tuwangudde." }, { "english": "How is woodwork done?", "luganda": "Emirimu gy'okubajja gikolebwa gitya?" }, { "english": "What benefit is the disciplinary court to the police?", "luganda": "Ekkooti ekwasisa empisa eganyula ki poliisi?" }, { "english": "The police officer's disciplinary charges were dropped.", "luganda": "Emisango gy'empisa egyaggulwa ku misirikale gyamuggyibwako." }, { "english": "What does the field force unit do?", "luganda": "Akabinja akatuukira ddala mu bantu kakola mulimu ki?" }, { "english": "In Ugandan law one is innocent until proven guilty.", "luganda": "Mu mateeka ga Uganda omuntu taba na musango okujjako nga asingisiddwa." }, { "english": "Why do police base their operations on assumptions?", "luganda": "Lwaki poliisi ekolera emirimu gyayo ku kuteebereza?" }, { "english": "The president's convoy is heavily guarded.", "luganda": "Emmotoka eziwerekera pulezidenti zikuumibwa nnyo." }, { "english": "He pleaded guilty for another offence.", "luganda": "Yewozaako nti teyazza musango mulala." }, { "english": "Police operations can fail.", "luganda": "Okunoonyereza kwa puliisi kusobola okugaana." }, { "english": "Commanders in police must give commands.", "luganda": "Abaduumizi mu poliisi balina okuwa ebiragiro." }, { "english": "Officers need to be trained in detecting danger.", "luganda": "Abaserikale balina okutendekebwa okukenga obuzibu." }, { "english": "Regrets are unnecessary since they are of the past.", "luganda": "Okwejjusa tekwetaagisa kubanga kuba mu byayita." }, { "english": "Suspects are brought before the court for cross-examination.", "luganda": "Abateeberezebwa baleetebwa mu kkooti okuwozesebwa." }, { "english": "Who witnessed the stoning of the president's convoy?", "luganda": "Ani yalaba nga bakuba emmotoka za pulezidenti amayinja?" }, { "english": "Some universities promote sports.", "luganda": "SSettendekero ezimu zitumbula ebyemizanyo." }, { "english": "During the dry season the sun was very hot.", "luganda": "Mu biseera by'omusana enjuba yali eyokya nnyo." }, { "english": "It's so noisy outside.", "luganda": "Wabweru wawoggana nnyo." }, { "english": "How many goals were scored in that game?", "luganda": "Goolo mmeka ezaateebeddwa mu muzannyo?" }, { "english": "I am so frustrated with work.", "luganda": "Ndi munyiikaavu nnyo n'omulimu." }, { "english": "Stop insulting me in public.", "luganda": "Lekera awo okunswaliza mu bantu." }, { "english": "I was so disappointed with our performance.", "luganda": "Naweddemu nnyo amaanyi n'enkola yaffe." }, { "english": "Who was the last in your class?", "luganda": "Ani eyasembye mu kibiina kyammwe?" }, { "english": "I enjoy playing football.", "luganda": "Nnyumirwa okuzannya omupiira." }, { "english": "Who is our team leader?", "luganda": "Ani akulira ttiimu yaffe?" }, { "english": "How much do windows cost?", "luganda": "Amadirisa gagula mmeka?" }, { "english": "A football team is made of twelve players.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira ekolebwa abazannyi kkumi na babiri." }, { "english": "Did you have enough food?", "luganda": "Walina emmere emala?" }, { "english": "What is the market?", "luganda": "Akatale kye ki?" }, { "english": "Who is your former employee?", "luganda": "Ani eyali omukozi wo?" }, { "english": "What brand of car is the most expensive?", "luganda": "Kika kya mmotoka ki ekisinga ebbeeyi?" }, { "english": "Stop mistreating your child.", "luganda": "Lekera awo okutulugunya omwana wo." }, { "english": "That is my casual dress.", "luganda": "Ekyo kye kiteeteeyi kyange kye nsiibamu." }, { "english": "He takes his job seriously.", "luganda": "Atwala omulimu gwe ng'ekikulu." }, { "english": "Why do you fear the unknown?", "luganda": "Lwaki otya ekitamanyiddwa?" }, { "english": "We need to promote gender equality in our communities.", "luganda": "Twetaaga okutumbula y'omwenkanonkano mu bitundu byaffe." }, { "english": "We need a better solution for child abuse.", "luganda": "Twetaaga enkola ennungi ey'okugonjoolamu okutulugunya abaana." }, { "english": "Which process do you follow to get a work permit?", "luganda": "Oyita mu mitendera ki okufuna ekiwandiiko ekikukkiriza okukola?" }, { "english": "Who can give me a loan.?", "luganda": "Ani asobola okumpola?" }, { "english": "Have you completed your homework?", "luganda": "Omaliriza omulimu ogwo ogw'okukolera ewaka?" }, { "english": "How much do you earn?", "luganda": "Ofuna mmeka?" }, { "english": "I brush my teeth every day.", "luganda": "Nsenya amannyo gange buli lunaku." }, { "english": "I don't like black colour.", "luganda": "Saagala langi nzirugavu." }, { "english": "Am having a game this afternoon.", "luganda": "Ninayo omuzannyo emisana gano." }, { "english": "We need to restore peace in northern Uganda.", "luganda": "Twetaaga okuzza emirembe mu bukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "You need to sign that contract.", "luganda": "Weetaaga okuteeka omukono ku ndagaano." }, { "english": "The coach was disappointed with the match results.", "luganda": "Omutendesi yanyoleddwa olw'ebyavudde mu muzannyo." }, { "english": "Are you wearing shorts?", "luganda": "Oyambadde mpale nnyimpi?" }, { "english": "Are you a football fan?", "luganda": "Oli muwagizi wa mupiira?" }, { "english": "How many players have injuries?", "luganda": "Bazannyi bameka abalina obuvune?" }, { "english": "January is the first month of the year.", "luganda": "Gatonnya gwe mwezi ogusooka mu mwaka." }, { "english": "How deep is lake victoria?", "luganda": "Ennyanja Nalubaale mpanvu kyenkana ki?" }, { "english": "What are you saying?", "luganda": "Ogamba ki?" }, { "english": "I love you so much.", "luganda": "Nkwagala nnyo." }, { "english": "What should be included in a funeral program?", "luganda": "Biki ebirina okuteekebwa mu nteekateeka y'okuziika?" }, { "english": "I plan to get married next year.", "luganda": "Nteekateeka okufumbirwa omwaka ogujja." }, { "english": "What time is the burial?", "luganda": "Okuziika kwa ssaawa mmeka?" }, { "english": "My car is very old.", "luganda": "Emmotoka yange nkadde nnyo." }, { "english": "How many brothers do you have?", "luganda": "Olina baganda bo abalenzi bameka?" }, { "english": "Do you have faith in God?", "luganda": "Olina okukkiriza mu Katonda?" }, { "english": "Send me a message on my phone.", "luganda": "Mpeereza obubaka ku ssimu yange." }, { "english": "Both the Bible and the Quran are holy books.", "luganda": "Bbayibuli ne Kolaani bombi bitabo bitukuvu." }, { "english": "That song has how many verses?", "luganda": "Oluyimba olwo lulina ennyiriri mmeka?" }, { "english": "The bible says that wives should respect their husbands.", "luganda": "Bbayibuli egamba nti abakyala balina okuwa abaami baabwe ekitiibwa." }, { "english": "Do you read the bible?", "luganda": "Osoma bbayibuli?" }, { "english": "What is your relationship with the deceased?", "luganda": "Enkolagana ki gy'olina n'omugenzi?" }, { "english": "Muhammed was the last prophet according to Islam.", "luganda": "Muhammed ye nnabbi eyasembayo okusinziira ku busiraamu." }, { "english": "Islam is the second-largest religion in Uganda.", "luganda": "Obusiraamu ye ddiini ey'okubiri ku zisinga bunene mu Uganda." }, { "english": "Which book and verse are you reading from the bible?", "luganda": "Kitabo ki n'olunyiriri by'osoma mu bbayibuli?" }, { "english": "Why is drug abuse bad for your life?", "luganda": "Lwaki okukozesa ebiragalalagala kibi eri obulamu bwo?" }, { "english": "We must stop gender violence.", "luganda": "Tulina okukomya obutabanguko obwesigamizidde ku kikula." }, { "english": "Prevention is better than cure.", "luganda": "Okutangira kusinga okuwonya." }, { "english": "How do we prevent the spread of malaria?", "luganda": "Tutangira tutya okusaasaana kw'omusujja gw'ensiri?" }, { "english": "What is the role played by Christians in the church's expansion?", "luganda": "Mulimu ki ogukolebwa abakrisitaayo mu kugaziya ekkanisa?" }, { "english": "How much are clay bricks?", "luganda": "Amataffaali g'ebbumba ga mmeka?" }, { "english": "Can you give me directions to your church?", "luganda": "Osobola okumpa endagiriro egenda ku kkanisa yammwe?" }, { "english": "Pastors preach the gospel.", "luganda": "Abasumba babuulirira engiri." }, { "english": "Don't forget to comb your hair.", "luganda": "Teweerabira okusanirira enviiri zo." }, { "english": "What are you planning to do after retirement?", "luganda": "Ki ky'oteekateeka okukola ng'owummudde?" }, { "english": "What is the retirement age for the clergy?", "luganda": "Abasumba bawummulira ku myaka emeka?" }, { "english": "We need a project sponsor.", "luganda": "Twetaaga avujjirira pulojekiti." }, { "english": "How old are you?", "luganda": "Olina emyaka emmeka?" }, { "english": "Where did you come from?", "luganda": "Wava wa?" }, { "english": "I use the left hand to write.", "luganda": "Nkozesa omukono gwa kkono okuwandiika." }, { "english": "I am going back home.", "luganda": "Nzirayo waka." }, { "english": "How many senses do we have?", "luganda": "Tulina mpulirizwa mmeka?" }, { "english": "Do you have my email address?", "luganda": "OIina mmeyiro yange?" }, { "english": "When did you retire?", "luganda": "Wawummula ddi?" }, { "english": "I have a beautiful home.", "luganda": "Nnina amaka amalungi." }, { "english": "It's not your fault that you got bad grades.", "luganda": "Si nsobi yo nti yafuna obubonero obubi." }, { "english": "Which couple wedded on Sunday?", "luganda": "Baagalana ki abaafumbirwa ku Sande?" }, { "english": "Baganda girls kneel while greeting elders.", "luganda": "Abawala Abaganda bafukamira nga babuuza abantu abakulu." }, { "english": "What is the responsibility of the father in the family?", "luganda": "Taata alina buvunaanyizibwa ki mu maka?" }, { "english": "Where do you live?", "luganda": "Obeera wa?" }, { "english": "My father is in the army.", "luganda": "Taata wange ali mu magye." }, { "english": "He was taken to the disciplinary committee.", "luganda": "Yatwaliddwa mu kakiiko akakwasisa empisa." }, { "english": "Are you listening to music?", "luganda": "Owuliriza ennyimba?" }, { "english": "How many rooms are in that house?", "luganda": "Bisenge bimeka ebiri mu nnyumba eyo?" }, { "english": "Christians read the Holy Bible.", "luganda": "Abakrisitaayo basoma bbayibuli." }, { "english": "Can you sing the national anthem?", "luganda": "Osobola okuyimba oluyimba lw'eggwanga?" }, { "english": "We need building materials.", "luganda": "Twetaaga ebizimbisibwa." }, { "english": "What is your daily routine?", "luganda": "Okola biki buli lunaku?" }, { "english": "Sensitize the public about gender violence.", "luganda": "Tegeeza abantu ku butabanguko obwesigamiziddwa ku kikula?" }, { "english": "He reached to me for help.", "luganda": "Yannyamba." }, { "english": "What is the size of your septic tank?", "luganda": "Ekinnya kyo ekya kazambi kyenkana kitya?" }, { "english": "He failed the exams.", "luganda": "Yagwa ebigezo." }, { "english": "How do I connect my laptop to the internet?", "luganda": "Nnyunga ntya kompyuta yange ku mutimbagano?" }, { "english": "Water is a necessity of life.", "luganda": "Amazzi kyetaago mu bulamu." }, { "english": "Where can I park my car?", "luganda": "Nnyinza kusimba wa emmotoka yange?" }, { "english": "The month of March has thirty-one days.", "luganda": "Omwezi gwokusatu gulina ennaku asatu mu lumu." }, { "english": "Do you have access to clean water?", "luganda": "Osobola okufuna amazzi amayonjo?" }, { "english": "We need a new place where we can deposit the sewerage.", "luganda": "Twetaaga ekifo ekipya we tusobola okusuula kazambi." }, { "english": "How many leave days do you have?", "luganda": "Olina ennaku z'okuwummula ku mulimu mmeka?" }, { "english": "Arua is a clean city.", "luganda": "Arua kibuga kiyonjo." }, { "english": "There was an accident on Masaka road.", "luganda": "Waabaddewo akabenje ku luguudo lw'e Masaka." }, { "english": "Many people died as a result of a car accident.", "luganda": "Abantu bangi baafa olw'akabenje." }, { "english": "Drivers should not go over speed.", "luganda": "Abavuzi tebalina kuvuga ndiima." }, { "english": "The roads have a lot of potholes.", "luganda": "Enguudo zirumu ebinnya bingi nnyo." }, { "english": "The lorry needs to be repaired.", "luganda": "Loole yeetaaga okuddaabirizibwa." }, { "english": "People shouldn't carry out mob justice.", "luganda": "Abantu tebalina kutwalira mateeka mu ngalo." }, { "english": "More security guards were employed to improve security.", "luganda": "Abakuumi abalala baaleeteddwa okwongera ku bukuumi." }, { "english": "A thief attacked the security guard.", "luganda": "Omubbi yalumba omukuumi." }, { "english": "We should follow the rules and regulations.", "luganda": "Tulina okugoberera amateeka n'ebiragiro." }, { "english": "There was a court session today.", "luganda": "Waabaddewo olutuula lwa kkooti leero." }, { "english": "Another court session will be conducted tomorrow.", "luganda": "Olutuula lwa kkooti olulala lujja kubaawo enkya." }, { "english": "The suspects denied everything.", "luganda": "Abateeberezebwa beegaana buli kintu." }, { "english": "The public should freely enjoy certain services.", "luganda": "Abantu balina okunyumirwa empereza ezimu ku bwereere." }, { "english": "We were told to list all corrupt officials.", "luganda": "Twagambiddwa okumenya abakungu bonna abalya enguzi." }, { "english": "The list of corrupt officials was published.", "luganda": "Olukalala lw'abakungu abalya enguzi lwafulumiziddwa." }, { "english": "A new market is being constructed.", "luganda": "Akatale akapya kazimbibwa." }, { "english": "Construction started one year ago.", "luganda": "Okuzimba kwatandika mwaka gumu emabega." }, { "english": "The construction was completed.", "luganda": "Okuzimba kwamalirizibwa." }, { "english": "A new hospital is being built.", "luganda": "Eddwaliro eppya lizimbibwa." }, { "english": "Many foods are sold in the market.", "luganda": "Emmere nnyingi etundibwa mu katale." }, { "english": "Power was on and off yesterday.", "luganda": "Amasannyalaze gaabadde gavaavaako eggulo." }, { "english": "They installed solar systems.", "luganda": "Baataddewo amasannyalaze g'enjuba." }, { "english": "The construction of the market is still ongoing.", "luganda": "Okuzimba akatale kukyagenda mu maaso." }, { "english": "The hospital needs more doctors.", "luganda": "Eddwaliro lyetaaga abasawo abalala." }, { "english": "Health workers should help patients.", "luganda": "Abasawo balina okuyamba abalwadde." }, { "english": "The workers struck over salary issues.", "luganda": "Abakozi beekalakaasizza ku nsonga z'omusaala." }, { "english": "His salary was increased.", "luganda": "Omusaala gwe gwayongezeddwa." }, { "english": "Students should work hard for good grades.", "luganda": "Abayizi balina okukola ennyo okuyita obulungi." }, { "english": "The guest of honour gave an interesting speech.", "luganda": "Omugenyi omukulu yawadde okwogera okunyuvu." }, { "english": "Everyone contributes to the development of a community.", "luganda": "Buli omu alina ky'akola ku nkulaakulana y'ekitundu." }, { "english": "The education system needs to be upgraded.", "luganda": "Ebyenjigiriza byetaaga kwongerwamu." }, { "english": "They discussed the challenges students face in school.", "luganda": "Baakubaganya ebirowozo ku kusoomoozebwa abayizi kwe basanga mu ssomero." }, { "english": "They also discussed the solutions to the challenges school children face.", "luganda": "Baakubaganya ebirowoozo ne ku ngeri z'okugonjoolamu okusoomoozebwa abaana b'amasomero kwe basanga." }, { "english": "We need to work together.", "luganda": "Twetaaga okukolera awamu." }, { "english": "The minister called upon us to unite and live harmoniously.", "luganda": "Minisita yatusabye okukwatagana tubeere mu mirembe." }, { "english": "Awareness of public health is being done.", "luganda": "Okumanyisibwa ku byobulamu kukolebwa." }, { "english": "Gender-based violence is punishable.", "luganda": "Obutabanguko obwesigamiziddwa ku kikula kibonerezebwa." }, { "english": "Children need to be counselled.", "luganda": "Abaana beetaaga okubudaabudibwa." }, { "english": "Parents shouldn't mistreat their children.", "luganda": "Abazadde tebalina kubonyaabonya baana baabwe." }, { "english": "There are vast cultures in the world.", "luganda": "Obuwangwa bungi nnyo mu nsi." }, { "english": "Children should be sensitized about the dangers of homosexuality.", "luganda": "Abaana alina okumanyisibwa ku kabi k'ebisiyaga." }, { "english": "They were requested to submit a report.", "luganda": "Baasabiddwa okuwaayo alipoota." }, { "english": "Arua registered a high crime rate this month.", "luganda": "Arua yabaddemu obuzzi bw'emisango bungi omwezi guno." }, { "english": "Children should respect their elders.", "luganda": "Abaana balina okuwa bakulu baabwe ekitiibwa." }, { "english": "Parenthood is a big responsibility.", "luganda": "Obuzadde buvunaanyizibwa bunene." }, { "english": "Prostitution should be prohibited.", "luganda": "Obwamalaya bulina okuwerebwa." }, { "english": "There are many family disputes.", "luganda": "Waliwo enkaayana nnyingi mu maka." }, { "english": "There were many accidents in Northern Uganda last month.", "luganda": "Waaliwo obubenje bungi mu bukiikakkono bwa Uganda omwezi oguwedde." }, { "english": "Eastern Uganda has been developed.", "luganda": "Obuvanjuba bwa Uganda bukulaakulanyiziddwa." }, { "english": "They expressed their dissatisfaction.", "luganda": "Baalaga obutali bumativu bwabwe." }, { "english": "People should be sensitized about road safety to avoid accidents.", "luganda": "Abantu balina okumanyisibwa ku nkozesa y'oluguudo ennungi okwewala obubenje." }, { "english": "Water accidents are rare these days.", "luganda": "Obubenje ku mazzi butono ennaku zino." }, { "english": "A new ferry was purchased today.", "luganda": "Ekidyeri ekipya kyaguliddwa leero." }, { "english": "Many people use the ferry.", "luganda": "Abantu bangi bakozesa ekidyeri." }, { "english": "The ferry makes three trips in a day.", "luganda": "Ekidyeri kisomba emirundi esatu mu lunaku." }, { "english": "They requested the ferry to make more trips.", "luganda": "Baasaba ekidyeri okusomba emirundi emirala." }, { "english": "Water safety is a critical point of discussion.", "luganda": "Obutebenkevu ku mazzi nzonga nkulu mu kukubaganya birowoozo." }, { "english": "The chairman said a water accident occurred today.", "luganda": "Ssentebe yagambye akabenje ku mazzi kaaguddewo leero." }, { "english": "The ferry was overloaded.", "luganda": "Ekidyeri kyabadde kitisse nnyo." }, { "english": "More life jackets should be provided to users of water transport.", "luganda": "Obukooti obwambalibwa ku mazzi obulala bulina okuweebwa abakozesa entambula y'oku amazzi." }, { "english": "The church donated Life-saving equipment.", "luganda": "Ekkanisa yawaayo ebintu ebitaasa obulamu." }, { "english": "Children also need life jackets.", "luganda": "Abaana nabo beetaga obukooti obwamabalibwa ku mazzi." }, { "english": "They were scared of using water transport.", "luganda": "Baali batidde okukozesa entambula y'oku mazzi." }, { "english": "Corrupt officers have been suspended.", "luganda": "Abakungu abalya enguzi bawummuziddwamu." }, { "english": "We did not receive any money from him.", "luganda": "Tetwafuna ssente zonna kuva ewuwe." }, { "english": "They were suspended for three months.", "luganda": "Baawummuziddwamu okumala emyezi esatu." }, { "english": "Corruption was highly condemned.", "luganda": "Obuli bw'enguzi bwavumirirwa nnyo." }, { "english": "The funds were embezzled.", "luganda": "Obuyambi bwabulankanyizibwa." }, { "english": "He was worried about the safety of the region.", "luganda": "Yabadde mweraliikirivu n'obuluumi bw'ekitundi." }, { "english": "They are working on a project to improve the safety of the region.", "luganda": "Bakola ku pulojekiti y'okutumbula obukuumi mu kitundu." }, { "english": "The residents requested for accountability.", "luganda": "Abatuuze baasabye embalirira." }, { "english": "The project was not supervised.", "luganda": "Pulojekiti teyalondoolebwa." }, { "english": "All participants were requested to account for the money they received.", "luganda": "Abeetabamu bonna baasabibwa okuwa embalirira ya ssente ze baafuna." }, { "english": "Thieves shouldn't be let out of prison.", "luganda": "Ababbi tebalina kuteebwa kuva mu kkomera." }, { "english": "The leaders had a team-building workshop.", "luganda": "Abakulembeze baabadde n'omusomo gw'okuzimba enkolagana." }, { "english": "The funding was not enough for us to complete the project.", "luganda": "Obuvujjirizi bwali tebutumala kumaliriza pulojekiti." }, { "english": "They apologized for the improper use of the grant they had received.", "luganda": "Beetonda olw'obutakozesa bulungi ssente ze baafuna." }, { "english": "They were requested to return the money they had received.", "luganda": "Baasabibwa okukomyawo ssente ze baali bafunye." }, { "english": "We have not received any payment since last year.", "luganda": "Tebannasasulibwa yadde okuva omwaka oguwedde." }, { "english": "Every expenditure was recorded.", "luganda": "Buli nsaasaanya yawandiikibwa." }, { "english": "The education sector received more funding.", "luganda": "Ebyenjigiriza byafuna ssente endala." }, { "english": "He was arrested yesterday.", "luganda": "Yakwatiddwa eggulo." }, { "english": "Child labour is punishable.", "luganda": "Okukozesa abaana kikangavvulwa." }, { "english": "Children really like playing.", "luganda": "Abaana mu butuufu baagala okuzannya." }, { "english": "The graduation ceremony was held yesterday.", "luganda": "Omukolo gw'amatikkira gwabaddwo eggulo." }, { "english": "Parents were encouraged to pay schools fees in time.", "luganda": "Abazadde baakubiriziddwa okusasula ebisale by'essomero mu budde." }, { "english": "The headteacher did not address the students.", "luganda": "Omukulu w'essomero teyayogera eri bayizi." }, { "english": "The students' performance has improved.", "luganda": "Enkola y'abayizi yeeyongedde." }, { "english": "Education should be affordable.", "luganda": "Okusoma kulina okuba nga kusobolwa." }, { "english": "Children should attend all lessons while at school.", "luganda": "Abaana balina okusoma amasomo gonna nga bali ku ssomero." }, { "english": "Children should be guided when making career choices.", "luganda": "Abaana balina okulambikibwa nga bakola okusalawo mu mirimu." }, { "english": "The school was closed.", "luganda": "Essomero lyaggalwa." }, { "english": "New job opportunities have been announced.", "luganda": "Emirimu emipya girangiddwa." }, { "english": "Parents have invested in educating their children.", "luganda": "Abazadde batadde ssente mu kusomesa abaana baabwe." }, { "english": "Parents had a meeting to discuss their children's performance.", "luganda": "Abazadde babadde n'olukiiko okukubaganya ebirowoozo ku nsoma y'abaana baabwe." }, { "english": "Parents sacrifice a lot to keep their children in school.", "luganda": "Abazadde beerekereza nnyo okukuumira abaana baabwe mu ssomero." }, { "english": "Children should visit their relatives.", "luganda": "Abaana balina okukyalirira abenganda zaabwe." }, { "english": "Parents should look after all their children.", "luganda": "Abazadde balina okulabirira abaana baabwe bonna." }, { "english": "The problem of irregular power supply still exists in Uganda.", "luganda": "Ekizibu ky'okuvaavaako kw'amasannyalaze kikyaliwo mu Uganda." }, { "english": "The constant power supply in a given area attracts investments.", "luganda": "Amasannyalaze agatavaako mu kitundu gasikiriza okusiga ensimbi." }, { "english": "What is the role of the ministry of energy in Uganda?", "luganda": "Minisitule y'obugagga obw'ensibo ekola mulimu ki mu Uganda?" }, { "english": "Feedback helps us to evaluate the effectiveness of something.", "luganda": "Okuddibwamu kutuyamba okutegeera we tutuuse kw'ekyo ekyetaagibwa." }, { "english": "What should be done to ensure a stable and reliable power supply in Uganda?", "luganda": "Ki ekirina okukolebwa okuba n'amasannyalaze agatavaavaako mu Uganda?" }, { "english": "Investors consider certain factors before investing.", "luganda": "Bamusigansimbi balina ebintu bye bafaako nga tebannasiga nsimbi." }, { "english": "What makes power supply insufficient?", "luganda": "Ki ekiviirako embunyisa y'amasannyalaze obutamala?" }, { "english": "The number of people who want to buy determines how much should be supplied.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu abaagala okugula gusalawo bungi ki obulina okuleetebwa." }, { "english": "Some tree species are used to make electric poles.", "luganda": "Ebika by'emiti ebimu bikozesebwa mu kukola ebikondo by'amasannyalaze." }, { "english": "Poor quality poles can easily fall during stormy rains.", "luganda": "Ebikondo by'omutindo omubi bigwa mangu mu nkuba erimu kibuyaga." }, { "english": "What role do members of parliament play?", "luganda": "Ababaka ba paalamenti bakola mulimu ki?" }, { "english": "In what units is electricity measured?", "luganda": "Amasannyalaze gapimibwa mu bigero ki?" }, { "english": "Dams are built across rivers or streams.", "luganda": "Amabibiro gazimbibwa ku migga." }, { "english": "Why do we need the chief administrative officers?", "luganda": "Lwaki twetaaga akulira emirimu ku disitulikiti?" }, { "english": "The inspectorate of government is in charge of eliminating corruption in public office.", "luganda": "Kaliisoliiso wa gavumenti avunaanyizibwa ku kumalawo enguzi mu woofiisi za gavumenti." }, { "english": "The inspector general of government cancelled his transfer letter.", "luganda": "Kaliisoliiso wa gavumenti yasazizzaamu ebbaluwa ye emukyusa." }, { "english": "Who is in charge of government officials' transfers?", "luganda": "Ani avunaanyizibwa ku kukyusa abakungu ba gavumenti?" }, { "english": "The police investigations should not be interfered with.", "luganda": "Okunoonyereza kwa poliisi tekulina kweyingizibwamu." }, { "english": "Key witnesses are those that can give first-hand evidence of some event.", "luganda": "Abajulizi ab'enkizo beebo abasobola okuwa obujulizi obw'enkukunala kw'ekyo ekyabaddewo." }, { "english": "Most leaders have an immediate assistant that helps them in role execution.", "luganda": "Abakulembeze abasinga balina omuyambi abayambako okutuukiriza emirimu." }, { "english": "An investigation is a systematic examination to prove that something actually happened.", "luganda": "Okunoonyereza kwe kwetegereza okuyita mu mitendera okukakasa oba ddala ekintu kyaliwo." }, { "english": "He was arrested under allegations of fund mismanagement.", "luganda": "Yakwatibwa ku by'okukozesa obubi ensimbi." }, { "english": "Some people hold false allegations on others.", "luganda": "Abantu abamu boogera ebitali bituufu ku balala." }, { "english": "They shall be departing from home in the evening.", "luganda": "Bajja kuba bava ewaka akawungezi." }, { "english": "Workers should avoid overly being absent from work.", "luganda": "Abakozi balina okwewala okwosaayosa ennyo ku mirimu." }, { "english": "Let go of things that do not take you forward.", "luganda": "Weesonyiwe ebintu ebitakutwala mu maaso." }, { "english": "Who is a colleague?", "luganda": "Munno y'ani?" }, { "english": "Unity means we put aside our differences and work together.", "luganda": "Obumu kitegeeza tuteeka ku bbali enjawukana zaffe ne tukolera wamu." }, { "english": "Pray to God for anything.", "luganda": "Saba Katonda ekintu kyonna." }, { "english": "Public officers serve the public at large.", "luganda": "Woofiisi za gavumenti ziweereza abantu bonna." }, { "english": "Some areas fail to develop due to corrupt and bad leaders.", "luganda": "Ebitundu ebimu biremwa okukulaakulana olw'abakulembeze abalya enguzi n'ababi." }, { "english": "Why do people steal?", "luganda": "Lwaki abantu babba?" }, { "english": "The inspectorate of government in Uganda initiates investigations concerning public resources.", "luganda": "Kalondoozi wa gavumenti mu Uganda atandika okunoonyereza okwekuusa ku bintu bya gavumenti." }, { "english": "Under what conditions will a money transfer be cancelled?", "luganda": "Mu mbeera ki okusindikibwa kwa ssente we kujja okusazibwamu?" }, { "english": "Why should a mobile money transfer be cancelled?", "luganda": "Lwaki entabuza ya ssente ku mobayiro mane kusazibwamu?" }, { "english": "The army directives have to be followed.", "luganda": "Ebiragiro by'amagye birina okugobererwa." }, { "english": "Government officials can be transferred to any part of Uganda for work purposes.", "luganda": "Abakungu ba gavumenti basobola okutwalibwa mu kitundu kya Uganda kyonna olw'emirimu." }, { "english": "What role does the deputy chief administrative officer play?", "luganda": "Omumyuka w'akulira eby'emirimu akola mulimu ki?" }, { "english": "How can we ensure the smooth flow of investigations?", "luganda": "Tuyinza kutambuza tutya okunoonyereza obulungi?" }, { "english": "The police arrests wrongdoers.", "luganda": "Poliisi ekwata abakozi b'ebikolobero." }, { "english": "Does arresting a criminal resolve anything?", "luganda": "Okukwata omuzzi w'omusango kirina kye kigonjoola kyonna?" }, { "english": "What time shall he depart from the village?", "luganda": "Budde ki bw'anaaviirako mu kyalo?" }, { "english": "Absenteeism could be a leading factor for poor performance.", "luganda": "Okwosa kuyinza okuba ensonga ekulembedde eviirako okukola obubi." }, { "english": "Money disputes can be hard to amend.", "luganda": "Enkaayana za ssente zisobola okuba enzibu okugonjoola." }, { "english": "On his retirement he had to handover office to the new manager.", "luganda": "Ku kuwummula kwe yalina okuwaayo woofiisi eri omukulu omupya." }, { "english": "Let us work together to achieve our set goals.", "luganda": "Tukolere wamu okutuuka ku biruubiriwa byaffe." }, { "english": "How can a good reputation be restored?", "luganda": "Ekifaananyi ekirungi kisobola kuzzibwawo kitya?" }, { "english": "The government hires people to work on its behalf.", "luganda": "Gavumenti epangisa abantu okukola ku lwayo." }, { "english": "What is the duty of the district chairman?", "luganda": "Ssentebe wa disitulikiti akola mulimu ki?" }, { "english": "There is a lot of corruption going on in our country.", "luganda": "Waliwo obuli bw'enguzi bungi mu ggwanga lyaffe." }, { "english": "The festive season is a season to celebrate.", "luganda": "Ekiseera ky'ebikujjuko kiseera kya kujaguza." }, { "english": "God is very gracious.", "luganda": "Katonda wa kisa nnyo." }, { "english": "God loves everyone just the way they are.", "luganda": "Katonda buli omu amawagala nga bw'ali." }, { "english": "On Christmas Day we celebrate the birth of Jesus Christ.", "luganda": "Ku lunaku lwa ssekukkulu tujaguza amazaalibwa ga Yesu Kristo." }, { "english": "Jesus Christ was born to save the world from its sins.", "luganda": "Yesu krisito yazaalibwa okutaasa ensi okuva mu bibi byayo." }, { "english": "Families spend a lot on food and clothing during the festive season.", "luganda": "Amaka gasaasaanya nnyo ku mmere n'engoye mu biseera by'ebikujjuko.." }, { "english": "Family expenditures usually rise during the festive season.", "luganda": "Ensaansaanya y'amaka etera okweyongera mu biseera by'ebikujjuko." }, { "english": "Is it true that rumour-mongering is a form of corruption?", "luganda": "Kituufu nti olugambo ngeri ya buli bwa nguzi?" }, { "english": "Through reading scriptures we get to know more about Jesus Christ.", "luganda": "Mu kusoma ebyawandiikibwa tumanya ebisingawo ku Yesu Krisitu." }, { "english": "How can one steal church money?", "luganda": "Omutu ayinza atya okubba ssente z'ekkanisa?" }, { "english": "How can you best define dubious ways?", "luganda": "Oyinza kunnyonnyola otya engeri z'obuggyeemu?" }, { "english": "Auditors manage the auditing process.", "luganda": "Ababalirizi bakwasaganya okubalirira." }, { "english": "Accountants can best manage money-related issues.", "luganda": "Ababazi b'ebitabo basobola okukwasaganya obulungi ebintu ebyekuusa ku ssente." }, { "english": "The church needs to save its money in the bank.", "luganda": "Ekkanisa yeetaaga okuteleka ssente zaayo mu bbanka." }, { "english": "Money should be accounted for.", "luganda": "Ssente zirina okubalirirwa." }, { "english": "Keep your money safe.", "luganda": "Kuuma ssente zo bulungi." }, { "english": "Cash in hand can easily go missing.", "luganda": "Ssente z'olinawo zisobola okubula mangu." }, { "english": "What is written in an apology letter?", "luganda": "Ki ekiwandiikibwa mu bbaluwa y'okwetonda?" }, { "english": "What should be done to eradicate corruption in church?", "luganda": "Kiki ekirina okukolebwa okumalawo obuli bw'enguzi mu kkanisa?" }, { "english": "The Church has a different form of governance.", "luganda": "Ekkanisa erina obukulembeze obw'enjawulo." }, { "english": "People celebrate Christmas and the new year in different ways.", "luganda": "Abantu bagaguza ssekukkulu n'olusookoomwaka mu ngeri ez'enjawulo." }, { "english": "How can mere civilians steal guns from the Uganda People's Defence Force?", "luganda": "Abantu ba bulijjo bayinza batya okubba emmundu okuva ku magye g'eggwanga?" }, { "english": "Who is responsible for the lost guns?", "luganda": "Ani avunaanyizibwa ku mmundu ezaabuze?" }, { "english": "Murders and robberies cause insecurity in the community.", "luganda": "Abatemu n'abanyaguluzi baleetawo obunkenke mu kitundu." }, { "english": "Security agencies also provide security to people.", "luganda": "Ebitongole ebikuumaddembe nabyo biwa abantu obukuumi." }, { "english": "Some people are peaceful and loving.", "luganda": "Abantu abamu ba mirembe era baagala." }, { "english": "The public helps security in fighting crime.", "luganda": "Abantu bayamba mu bukuumi nga balwanyisa emisango." }, { "english": "A lot of items were sold during the trade show.", "luganda": "Ebintu bingi nnyo byatundiddwa mu mwoleso." }, { "english": "What is the need for curfew?", "luganda": "Kafyu wa bwetaavu ki?" }, { "english": "Curfew was implemented to prevent the spread of coronavirus.", "luganda": "Kafyu yateekebwawo okutangira okusaasaana kw'akawuka ka kolona." }, { "english": "Thugs are criminals and are a threat to the community.", "luganda": "Abayaaye bazzi ba misango era ba bulabe eri ekitundu." }, { "english": "During the festive season over five families were stolen in the area.", "luganda": "Mu biseera by'ebikujjuko amaka agasukka mu ataano gabbibwa mu kitundu." }, { "english": "The police survey the village whenever the curfew time approaches.", "luganda": "Poliisi erawuna ekitundu buli budde bwa kafyu lwe butuuka." }, { "english": "Report any suspicious people or activities to the authorities.", "luganda": "Loopa abantu bonna bonna oba ebikolwa ebyekengerwa eri aboobuyinza." }, { "english": "What role is played by the permanent secretary?", "luganda": "Omuwandiisi w'enkalakkalira akola mulimu ki?" }, { "english": "Investigations are ongoing about corruption in public offices.", "luganda": "Okunoonyereza kugenda mu maaso ku buli bw'enguzi mu woofiisi za gavumenti." }, { "english": "Bees stay in beehives.", "luganda": "Enjuki zibeera mu mizinga." }, { "english": "How can stolen funds be recovered?", "luganda": "Ensimbi ezibbiddwa ziyinza kuddizibwawo zitya?" }, { "english": "Key witnesses are very important in an investigation.", "luganda": "Abajulizi ab'enkizo ba mugaso nnyo mu kunoonyereza." }, { "english": "What is the appropriate action to be taken in this situation?", "luganda": "Ki ekituufu eky'okukolebwa mu mbeera eno?" }, { "english": "Why should some letters be copied to other people?", "luganda": "Lwaki ebbaluwa ezimu ziweerezebwako abantu abalala?" }, { "english": "Listen to the advice given to you.", "luganda": "Wuliriza amagezi agakuweebwa." }, { "english": "What causes people to abandon office?", "luganda": "Kiki ekireetera abantu okusuulawo woofiisi?" }, { "english": "Unlawful actions are punishable by law.", "luganda": "Ebikolwa ebitali mu mateeka bibonerezebwa mu mateeka." }, { "english": "The education sector requires funding to grow.", "luganda": "Ebyenjigiriza byetaaga obuvujjirizi okukula." }, { "english": "What happens at fundraising dinners?", "luganda": "Kiki ekibeera ku kyeggulo ky'okusonderako ensimbi?" }, { "english": "How much is an accounting course at the university?", "luganda": "Kkoosi y'obubalirirzi bw'ebitabo ya mmeka ku ssettendekero?" }, { "english": "Poor child parenting has caused a lot of problems for society?", "luganda": "Enkuza y'abaana embi evuddeko ebizibu bingi mu kitundu?" }, { "english": "Drug abuse is usually due to peer influence.", "luganda": "Okukozesa ebiragalalagala kitera kuva ku kusikirizibwa kw'emikwano." }, { "english": "Education widens our knowledge on very many things.", "luganda": "Okusoma kugaziya okumanya kwaffe ku bintu bingi nnyo." }, { "english": "The police did not attend the security meeting.", "luganda": "Poliisi teyakiise mu lukiiko lw'ebyokwerinda." }, { "english": "The spokesman's phone was unavailable.", "luganda": "Essimu y'omwogezi teyabaddeko" }, { "english": "The public is advised to follow the president's guidelines on Coronavirus.", "luganda": "Abantu bakubiriziddwa okugoberera ebiragiro by'omukulembeze w'egwanga ku kawuka ka ssennyiga omukwambwe.." }, { "english": "Some people do not observe social distancing.", "luganda": "Abantu abamu tebafaayo ku kya kwewa mabanga mu lujudde." }, { "english": "Transport was banned at border districts.", "luganda": "Eby'entambula byayimirizibwa ku bitundu by'ensalo." }, { "english": "Nightguards in Northern Uganda use bow and arrow to provide security.", "luganda": "Ab'akuumi b'ekiro mu bukiika ddyo bwa Uganda bakozesa busaale okukuuma emirembe." }, { "english": "The residents captured the thief.", "luganda": "Abatuuze bakutte omubbi." }, { "english": "A resident shot one of the soldiers.", "luganda": "Omutuuze yakubye omu ku baserikale essaasi." }, { "english": "The police discovered the suspect's bow and arrow.", "luganda": "Poliisi yazudde akasaale k'ateberezebbwa." }, { "english": "It is unclear why the suspect shot at the policeman.", "luganda": "Tekinnategerekeka lwaki ateberezebwa okuzza omusango yakubye omuserikale." }, { "english": "Police are gathering more evidence against the suspect.", "luganda": "Poliisi ekyanonyereza ku gwe bateberezza okuzza omusango." }, { "english": "The community worked with police to capture the suspect.", "luganda": "Abatuuze baakolaganye ne poliisi okufuna ateberezebbwa okuzza emisango." }, { "english": "The officer that was shot is now in good condition.", "luganda": "Omusirikale e yakubiddwa essasi ali mu mbeera nnungi kati." }, { "english": "The officer was transferred to the nearby hospital.", "luganda": "Omuserikale yatwaliddwa mu ddwaliro ery'okumpi." }, { "english": "The refugees were given food and shelter.", "luganda": "Abanoonyi b'obubudamu baawereddwa emmere n'ewokusula." }, { "english": "The community donated to the refugees living in the region.", "luganda": "Abatuuze baagabye obuyambi eri ababundabunda ababeera mu kitundu." }, { "english": "Food was the major basic need provided to the refugees.", "luganda": "Emmere kye ky'etaago ekikulu ekyaweereddwa abanoonyi b'obubudamu." }, { "english": "They donated to the most vulnerable teams.", "luganda": "Bawadde obuyambi eri tiimu ezisinga obwetaavu" }, { "english": "The old are considered more vulnerable than others.", "luganda": "Abakadde batwalibwa okuba nga be basinga obutaba na mwasirizi okusinga abalala." }, { "english": "Farmer groups will benefit from the donations.", "luganda": "Ebibiina by'abalimi bijja kuganyulwa mu buyambi." }, { "english": "The farmer groups will receive agricultural support.", "luganda": "Ebibiina by'abalimi bijja kufuna obuyambi bw'obulimi." }, { "english": "It rains during the planting season.", "luganda": "Enkuba ettonya mu biseera by'okusiga." }, { "english": "The refugees will receive rice.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu bajja kufuna omuceere." }, { "english": "The community thanked the donors for their support.", "luganda": "Abatuuze beebazizza abagabi b'obuyambi." }, { "english": "Peaceful donation encourages other groups to help the refugees.", "luganda": "Okugaba obuyambi okw'emirembe kusikiriza abantu abalala okuyamba abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "The refugees thanked God for sending donors to help them.", "luganda": "Ababundabunda b'ebaziza Katonda olw'okubasindikira abagabi b'obuyambi okubayamba." }, { "english": "The refugees said she now has food to feed her child.", "luganda": "Ababundabunda baagambye kati alina emmere ey'okuliisa omwana we." }, { "english": "A refugee said he will now be able to feed his family of six.", "luganda": "Omunoonyiboobubudamu yagambye kati ajja kuba asobola okuliisa famire ye ey'abantu omukaaga." }, { "english": "The refugee expressed his joy after receiving food.", "luganda": "Omunoonyiwoobubudamu yalaze essanyu oluvannyuma lw'okufuna emmere." }, { "english": "More members are encouraged to donate to the refugees.", "luganda": "Bamemba abalala bakubiriziddwa okugaba obuyambi eri abanoonyiboobubudamu" }, { "english": "The refugees have been affected by the coronavirus.", "luganda": "Abanoonyibo'obudamu bakoseddwa akawuka ka kolona." }, { "english": "The huge numbers make the refugee camp very vulnerable during coronavirus.", "luganda": "Obungi bw'abantu bufuula enkambi z'abanoonyiboobubudamu okubeera mu katyabaga mu biseera by'akawuka ka kaolona." }, { "english": "The donors will have to provide more than just the refugees' basic needs.", "luganda": "Abagabi b'obuyambi bajja kugabira abanoonyiboobubudamu ebintu ebyetaagisa mu bulamu obwa bulijjo ebisukka kw'ebyo bye beetaaga." }, { "english": "Selected women will receive sanitary towels.", "luganda": "Abakyala abalondeddwamu b'akufuna obuwero obukozesebwa mu nsonga z'ekikyakala." }, { "english": "The night guard shot a soldier.", "luganda": "Omukuumi w'ekiro yakubye omujaasi essaasi." }, { "english": "The residents handed the member to the police.", "luganda": "Abatuuze bawaddeyo mutuuze munabwe eri poliisi." }, { "english": "The officer was shot on the head.", "luganda": "Omuserikale yakubiddwa essasi ku mutwe." }, { "english": "The police retrieved the weapon.", "luganda": "Poliisi yazudde ekkisi." }, { "english": "They are not sure why the man shot the policeman.", "luganda": "Tebannakakasa lwaki omusajja yakubye omuserikale essaasi." }, { "english": "The community was appreciated for the good work done.", "luganda": "Abatuuze baasiimiddwa olw'emirimu emirungi gye bakola." }, { "english": "The wounded soldier is now out of danger.", "luganda": "Omusirikale eyatusibwako ebisago akubye ku matu." }, { "english": "The wounded soldier will go for a head scan.", "luganda": "Omujaasi alina ebisago wa kugenda akeberebwe omutwe." }, { "english": "The community member shot the policeman in the head.", "luganda": "Omutuuze w'omukitundu yakubye omuserikale essaasi ku mutwe." }, { "english": "He was shot while on curfew patrol.", "luganda": "Yakubiddwa essasi nga ali mu kikwekweto kya kafiyu." }, { "english": "The officer was referred to another hospital.", "luganda": "Omusirikale bamwongeddeyo mu ddwaliro eddala." }, { "english": "They were not sure of who shot the officer.", "luganda": "Babadde tebakakasa ani eyakubye omusirikale essasi." }, { "english": "The shot soldier was not in critical condition.", "luganda": "Omuserikale eyakubiddwa essasi teyabadde mu mbeera mbi." }, { "english": "They decided to take his injury seriously regardless of what it looked like.", "luganda": "Baasazeewo okutwala obuvune bwe nga nsonga nga tebafudde ku ngeri gye bufaananamu." }, { "english": "The police are on ground to find out who shot the policeman.", "luganda": "Abaserikale bali mu kunonyereza okuzuula ani yakubye munaabwe essasi." }, { "english": "He advised the community to take the curfew seriously.", "luganda": "Yawabudde abatuzze okutwala kafiyu nga nkulu." }, { "english": "The locals are advised to respect the curfew.", "luganda": "Abantu ba bulijo basabiddwa okugondera kafiyu." }, { "english": "The police arrested the man who sells bows and arrows.", "luganda": "Poliisi yakutte omusajja attunda obusaale." }, { "english": "The security team checked the policeman's health status.", "luganda": "Abakuuma ddembe bekenenyezza bulamu bw'omuserikale." }, { "english": "The suspect was taken to the police.", "luganda": "Ateberezebwa okuzza emisango bamutute ku poliisi." }, { "english": "The community was advised to use bow and arrows for the right reasons.", "luganda": "Abatuuze basabiddwa okukozesa obusaale awasanidde." }, { "english": "A few coronavirus patients were discharged.", "luganda": "Abalwadde b'akawuka ka kolona abatono baasibuddwa." }, { "english": "The patients were discharged from the hospital.", "luganda": "Abalwadde baasiibuddwa okuva mu ddwaliiro." }, { "english": "The patients are from another country.", "luganda": "Abalwadde bava munsi ndala." }, { "english": "The hospital is managing the coronavirus patients.", "luganda": "Eddwaliro likola ku balwadde b'akawuka ka ssenyigga omukambwe." }, { "english": "Some patients were discharged from the hospital.", "luganda": "Abalwadde abamu baasiibuddwa okuva mu ddwaliro." }, { "english": "Five of the patients were truck drivers.", "luganda": "Abataano ku balwadde babadde bavuzi ba bimotoka bi lukululana." }, { "english": "Most coronavirus patients are from the community.", "luganda": "Abalwadde b'akawuka ka kolona abasinga bavudde mu kitundu" }, { "english": "The number of patients will rise if not handled well.", "luganda": "Omuwendo gw'abalwadde gujja kulinnya singa tebakwatibwa bulungi." }, { "english": "Another patient was discharged today.", "luganda": "Omulwadde omulala yasiibuddwa leero." }, { "english": "It is getting harder to treat patients.", "luganda": "Kifuuse kizibu okujjanjaba abalwadde." }, { "english": "There is not enough space to accommodate patients.", "luganda": "Tewali kifo kimala wakukuumira balwadde." }, { "english": "The nurses do not have coronavirus protective equipment.", "luganda": "Abasaawo tebalina bikozesebwa bimala mu kwetangira kawuka ka kolona." }, { "english": "The hospital confirmed that the released patients were now well.", "luganda": "Eddwaliro lya kakasizza nti abalwadde abasiibuddwa baabadde bawonye bulungi." }, { "english": "The discharged patients will be followed up in case of any health changes.", "luganda": "Abalwadde abasiibuddwa bajja kusigala balondoolwa okumanya ebibafaako." }, { "english": "The mayor requested the health facility to be kind to the patients.", "luganda": "Omukulu w'ekibuga yasabye abasawo okubeera ab'ekisa eri abalwadde." }, { "english": "Coronavirus patients were isolated.", "luganda": "Abalwadde b'akawuka ka kolona baayawuliddwa." }, { "english": "The health team was commended for a job well done.", "luganda": "Abasawo baasiimiddwa olw'omulimu omulungi gwe bakoze." }, { "english": "The government promised to support medics.", "luganda": "Gavumenti yasubizza okukwatirako abasawo." }, { "english": "Successfully treated patients were discharged.", "luganda": "Abalwadde abawoonye baasiibuddwa." }, { "english": "The government was requested to bail business owners on their debts.", "luganda": "Gvumenti yasabiddwa eyambe ku bannannyini biziness ku mabbanja." }, { "english": "They used up their capital during the coronavirus pandemic.", "luganda": "Baakozesa ssente z'entandikwa mu kaseera k'ekirwadde bbynansi ekyakawuka ka kolona." }, { "english": "Business owners are requesting for tax waivers.", "luganda": "Ba nnannyini bizinesi basaba kukenderezebwa ku musolo." }, { "english": "Several businesses have been affected by this coronavirus situation.", "luganda": "Bizinesi nnyingi zikoseddwa embeera eno ey'akawuka ka kolona." }, { "english": "Businesses have made losses during the coronavirus pandemic.", "luganda": "Bizinesi zifiiriziddwa mu kaseera kano ak'ekirwadde ky'akawuka ka ssennyiga omukwambwe." }, { "english": "The government should provide businesses with better coping methods in this coronavirus pandemic.", "luganda": "Gavumenti erina okuteekawo embeera esobozesa abantu okuyita mu kaseera kano ak'akawuka ka kolona ku mirimu gyabwe." }, { "english": "Business owners complained of the high bank interest rates.", "luganda": "Ba nnanyini bizinesi bemulugunya olw'amagoba ga bank kwe beewolera okuba amangi." }, { "english": "Business owners don't have money to pay taxes.", "luganda": "Ba nnannyini bizinesi tebayina nsimbi kusasula misolo." }, { "english": "Lack of business activities negatively affects the community.", "luganda": "Ebbula ly'ebikolwa by'obusuubuzi likosa abatuuze." }, { "english": "The community requested for reduced electricity bills.", "luganda": "Abatuuze baasaba bakendereezebwe ku miwendo gy'amasannyalaze." }, { "english": "The government should listen to business owners to help reduce poverty levels.", "luganda": "Gavumenti erina okuwuliriza bananyini bizinesi kiyambeko okukendezza obwavu." }, { "english": "The management should improve administration investigation.", "luganda": "Akakiiko akakulembera kalina okulongoosa okunonyereza kw'abakozi." }, { "english": "The Church of Uganda owns the hospital.", "luganda": "Eddwaliro lya kkanisa ya Uganda." }, { "english": "Decisions will be made after consulting the bishops.", "luganda": "Okusalawo kujja kukolebwa oluvannyuma lw'okwebuuza ku balabirizi." }, { "english": "The staff struck because of unpaid salaries.", "luganda": "Abakozi bekalakaasa olw'emisaala egitannaba kusasulirwa." }, { "english": "One person can not make decisions for the whole community.", "luganda": "Omuntu omu tasobola kusalirawo batuuze bonna." }, { "english": "The hospital structure has been revised.", "luganda": "Ekizimbe ky'eddwaliro kidabiriziddwa." }, { "english": "Members have exaggerated hospital issues.", "luganda": "Abatuuze basavuwazizza ensonga z'eddwaliro." }, { "english": "There are disagreements amongst the church leaders.", "luganda": "Waliwo obutakkanya mu bakulembezze b'ekkanisa." }, { "english": "They started an investigation to help both parties involved.", "luganda": "Batandikawo okunonyereza okusobola okuyamba enjuyi zombi ezibirimu." }, { "english": "There is a huge communication gap between the two parties.", "luganda": "Waliwo obutakwatagana bungi mu by'empuliziganya wakati we'njuyi zombi." }, { "english": "Foreigners have offered support to the hospitals.", "luganda": "Abagwira bawadde amalwaliro obuyambi." }, { "english": "Increased staff will ensure service efficiency.", "luganda": "Abakozi abeyongeddeko bajja kusobozesa emirimu okutambula obulungi." }, { "english": "The hospital has not received foreign aid for a while now.", "luganda": "Kitutte akaseera ng'eddwaliro terifuna buyambi kuva mu nsi z'ebweru." }, { "english": "The hospital runs effectively despite the number of staff available.", "luganda": "Eddwaliro litambula bulungi si nsonga omuwendo gw'abakozi abaliwo." }, { "english": "Staff salaries should be revised.", "luganda": "Emisaala gy'abakozi girina okukyusibwamu." }, { "english": "The hospital staff was advised to be patient with the team.", "luganda": "Omukozi w'eddwaliro yasabiddwa okubeera omugumiikiriza eri banne." }, { "english": "The hospital staff requested for a salary raise.", "luganda": "Abakozi b'eddwaliro baasabye bongezebwe omusaala." }, { "english": "The hospital is a non-profit making organization.", "luganda": "Eddwaliro kitongole ekitakola magoba." }, { "english": "Eye patients were considered outcasts in the region.", "luganda": "Abalwadde b'amaaso baboolebwa mu kitundu." }, { "english": "The bed capacity of the hospital has increased.", "luganda": "Omuwendo gw'ebitanda ogw'eddwaliro gweyongedde." }, { "english": "The government offers annual support to the hospitals.", "luganda": "Gavumenti ewa amalwaliro obuyambi buli mwaka." }, { "english": "Cameras have been put in place to reduce the crime rate.", "luganda": "Kamera ziteekeddwawo okukendeezza ku bumenyi bw'amateeka." }, { "english": "Cameras are being installed across the country.", "luganda": "Kamera ziri mu kuteekebwawo okwetoloola eggwanga." }, { "english": "They installed more cameras than they had originally planned.", "luganda": "Bataddewo kamera nnyingi okusinga ze baali bategese okuteekawo mu ntandikwa." }, { "english": "The camera installation process started on Thursday.", "luganda": "Omulimu gw'okuteekawo kamera gwatandika ku lwakuna." }, { "english": "The installed cameras are not working.", "luganda": "Kkamera ezaatekebwawo tezikola." }, { "english": "The cameras will monitor accidents and crimes.", "luganda": "Kkamera zijja ku lawuna obubenje n'obuzzi bw'emisango." }, { "english": "The cameras were installed in trading centres.", "luganda": "Kkamera zateekebwa mu bubuga." }, { "english": "The cameras will replace eyewitnesses.", "luganda": "Kkamera zijja kusikira abajulizi." }, { "english": "The cameras will be used to trace vehicle number plates.", "luganda": "Kkamera zijja kukozesebwa okulaba namba puleeti z'emmotoka." }, { "english": "The installation of cameras will start in towns.", "luganda": "Okuwanika kamera kujja kutandika mu bibuga." }, { "english": "The member of parliament donated a tonne of maize.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti yawaddeyo kilo lukumi ez'akasooli." }, { "english": "They also donated hoes and maize seeds.", "luganda": "Era baagabye enkumbi n'ensigo za kasooli." }, { "english": "The seeds were handed directly to the farmers.", "luganda": "Ensigo zawereddwa abalimu buterevu." }, { "english": "The funds received will be used in a fight against coronavirus.", "luganda": "Ensimbi ezaafuniddwa zijja kukozesebwa mu kulwanyisa akawuuka ka ssenyigga omukambwe." }, { "english": "Recent donations will be towards coronavirus.", "luganda": "Obuyambi obuyise bujja kuyambako eri akawuka ka kolona." }, { "english": "The hospital received a computer to register patient records.", "luganda": "Eddwaliro lyafunye kompyuta okuwandiika ebikwata ku balwadde." }, { "english": "The community was requested to use the funds properly.", "luganda": "Abatuuze baasabiddwa okukozesa obulungi ensimbi." }, { "english": "Some of the money will be given to the security forces.", "luganda": "Ensimbi ezimu zijja kuwebwa abakuuma ddembe." }, { "english": "The leader will use the money to aid his constituency during the coronavirus pandemic.", "luganda": "Omukulembeze ajja kukozesa ensimbi okuyamba ekitundu ky'akiikirira mu kaseera k'ekirwadde bbunansi eky'akawuka ka kolona." }, { "english": "The leader used her money to fuel ambulances meant for use because of coronavirus.", "luganda": "Omukulembeze omukyala yakozesezza ssente ze okuteeka amafuta mu mmotoka ez'okutambuza abalwadde b'akawuka ka kolona." }, { "english": "The region leader bought seven ambulances.", "luganda": "Omukulembeze w'ekitundu yaguzze emmotoka musanvu ezitambuza abalwadde." }, { "english": "Some leaders donated farm seeds and materials.", "luganda": "Abakulembezze abamu baagabye ensigo ez'okusiga n'ebikozesebwa." }, { "english": "District members are not following the coronavirus guidelines.", "luganda": "Abakozi ba disitulikiti tebagoberera biragiro byassibwawo kulwanyisa kawuka ka kolona." }, { "english": "Candidate classes will report at the beginning of June.", "luganda": "Abasomi mu bibiina ebya kamalirizo bajja kuddayo ku ntandiikwa y'omwezi gw'omukaaga." }, { "english": "The school was used to isolate coronavirus patients.", "luganda": "Essomero lyakozesebwa okukumiramu abalwadde b'akawuka ka kolona." }, { "english": "About fifty-one people have been isolated.", "luganda": "Abantu nga ataano mu omu be bayawuddwa mu balala." }, { "english": "The quarantine centre has already reached its maximum.", "luganda": "Awakumirwa abalwadde b'akawuka ka ssenyigga omukambwe wajudde." }, { "english": "About four more people have joined isolation.", "luganda": "Abantu abalala nga bana beegasse ku baawuliddwa." }, { "english": "The regional leaders strongly rejected the use of schools for coronavirus patients.", "luganda": "Abakulembeze b'ebitundu baagaanira ddala eky'okukozesa amasomero nga ebifo by'abalwadde b'akawuka ka kolona." }, { "english": "The patients will stay in their homes.", "luganda": "Abalwadde bajja kusigala ewaka waabwe." }, { "english": "The quarantine centres are flooded with patients.", "luganda": "Ebifo bya kalantiini bikubyeko abalwadde." }, { "english": "They should speed up the identification of coronavirus patients.", "luganda": "Balina okwanguyaako okuzuula abalwadde b'akawuka ka kolona." }, { "english": "Suspected cases are monitored for fourteen days.", "luganda": "Abateeberezebwa okuba abalwadde balondoolebwa okumala ennaku kkumi na nnya." }, { "english": "Schools should not be used as quarantine centres.", "luganda": "Amasomero tegalina kukozesebwa nga bifo bya kukuumiramu balwadde." }, { "english": "The government should get independent quarantine centres.", "luganda": "Gavumenti erina okufuna ebifo bya kalantiini ebyetongodde." }, { "english": "Coronavirus patients are being treated in a regional hospital.", "luganda": "Abalwadde b'akawuka ka kolona bajjanjabirwa mu ddwaliro ly'ekitundu." }, { "english": "Refugees are looking for ways to enter the country.", "luganda": "Abanoonyi b'obubudamu banoonya ngeri ya kuyingira mu ggwanga." }, { "english": "Refugees get involved in animal grazing and cross-border farming.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu beenyigira mu kulunda ensolo n'okulima okusukka nsalo." }, { "english": "People have been advised to stop taking bribes.", "luganda": "Abantu baweereddwa amagezi okukomya okulya enguzi." }, { "english": "The member of parliament disagrees with the decisions made for his country.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti awakanya okusalawo okukoleddwa ku ggwanga lye." }, { "english": "He doesn't want to carry public funds.", "luganda": "Tayagala kukwata nsimbi za gavumenti." }, { "english": "Money meant for Coronavirus will be used for its exact purpose.", "luganda": "Ssente ezirina okuba ez'akawuka ka kolona zijja kukozesebwa omulimu gwazo." }, { "english": "He promised to follow the rules backed by the law.", "luganda": "Yeeyama okugoberera ebiragiro ebiri mu mateeka." }, { "english": "He returned the money to the parliament as requested by the speaker.", "luganda": "Yazza ssente mu paalamenti nga bwe yasabibwa sipiika." }, { "english": "I will not follow an illegal directive by the president.", "luganda": "Sijja kugoberera kiragiro kya pulezidenti ekimenya amateeka." }, { "english": "It is not legal to return the money we received.", "luganda": "Tekiri mu mateeka okuzza ssente ze twafuna." }, { "english": "He was thanked for returning the money to parliament.", "luganda": "Yeebazibwa olw'okuzza ssente mu paalamenti." }, { "english": "He said he would rather take the money home instead of the parliament.", "luganda": "Yagamba kisingako okutwala ensimbi ewaka mu kifo kya paalamenti." }, { "english": "The community thanked him for returning the money.", "luganda": "Abantu mu kitundu baamwebaza olw'okuzzaayo ssente." }, { "english": "It is only morally upright to return the money.", "luganda": "Kya mpisa okuzzaayo ssente" }, { "english": "He said it was intelligent to return the Parliament's money.", "luganda": "Yagamba kyali kya magezi okuzzaayo ssente za paalamenti." }, { "english": "The team was requested to return the money as soon as possible.", "luganda": "Ttiimu yasabibwa okuzzaayo ssente mu bwangu ddala nga bwe kisoboka." }, { "english": "Only five people returned the money.", "luganda": "Abantu bataano bokka be bazzaayo ssente." }, { "english": "The donations received will be used to purchase agricultural products.", "luganda": "Obuyambi obwafunibwa bujja kukozesebwa okugula ebiva mu bulimi ne mu bulunzi." }, { "english": "They donated food to the poor.", "luganda": "Baagabira abavu emmere." }, { "english": "The task force agreed to buy food for poor people.", "luganda": "Ttiimu yakkirizza okugulira abaavu emmere." }, { "english": "The team should receive agricultural produce from members of parliament.", "luganda": "Ttiimu erina okufuna ebirime okuva mu babaka ba paalamenti." }, { "english": "They said that they did not receive enough food.", "luganda": "Baagamba nti tebaafuna mmere emala." }, { "english": "The money should be given to the task force.", "luganda": "Ssente zirina okuweebwa akakiiko akakozi.." }, { "english": "What a declaration used for?", "luganda": "Okulangirirwa kukozesebwa mu ki?" }, { "english": "The public was furious that some people didn't want to return the money.", "luganda": "Abantu baanyiiga olw'abantu abamu obutaagala kuzzaayo ssente." }, { "english": "The public attacked those that failed to return the money.", "luganda": "Abantu baalumba abo abaalemererwa okuzzaayo ssente." }, { "english": "The people of the community should receive essentials as promised by the government.", "luganda": "Abantu b'ekitundu balina okufuna ebyetaagisa nga gavumenti bwe yabasuubiza." }, { "english": "The task force managed to contain the spread of diseases in the district.", "luganda": "Akakiiko akalabirizi kaasobola okufufugaza endwadde obutasaasaanira mu disitulikiti." }, { "english": "She handed over the twenty million shillings.", "luganda": "Yabakwasizza obukadde bw'ensimbi abiri." }, { "english": "The leader said he was still planning to return the money.", "luganda": "Omukulembeze yagamba nti yali akyateekateeka kuzzaayo ssente." }, { "english": "The funds were provided to fight against coronavirus.", "luganda": "Ensimbi zaaweebwayo okulwanyisa akawuka ka kolona." }, { "english": "The money was handed over to the task force.", "luganda": "Ssente zaaweebwayo eri akakiiko akafuzi." }, { "english": "The money was used to fight coronavirus.", "luganda": "Ssente zaakozesebwa okulwanyisa akawuka ka kolona." }, { "english": "The court decided to take back the money.", "luganda": "Kkooti yasalawo okuzaayo ssente." }, { "english": "The health sector will use the money.", "luganda": "Ab'ebyobulamu bajja kukozesa ssente." }, { "english": "The health sector will make great use of the money.", "luganda": "Ab'ebyobulamu bajja kukozesa bulungi ssente." }, { "english": "The health sectors need to face masks and gloves.", "luganda": "Ekisaaawe ky'ebyobulamu kyetaaga masiki ne giravu." }, { "english": "The district should spend money on quarantine centres.", "luganda": "Disitulikiti erina okusaasaanya ssente mu bifo bya kalantiini." }, { "english": "Development partners are providing fuel to the ambulances.", "luganda": "Bannamikago be bawa amafuta g'emottoka ezitambuza abalwadde." }, { "english": "Fuel is necessary if the ambulances should be on standby.", "luganda": "Amafuta getaagisa singa emmotoka ezitambuza abalwadde zirina okuba obulindala." }, { "english": "The task force was thanked for the great work done.", "luganda": "Akakiiko akalabirizi kebazibwa olw'omulimu omulungi ogwakolebwa." }, { "english": "He brought the money back home.", "luganda": "Yakomezzawo ssente ewaka." }, { "english": "The leaders were advised to be an example to their community.", "luganda": "Abakulumbeze basabiddwa okubeera eky'okulabirako eri abatuuze baabwe." }, { "english": "The money will be used for coronavirus related issues.", "luganda": "Ssente zijja kukozesebwa ku nsonga ezeekuusa ku kawuka ka kolona." }, { "english": "They were condemned for disobeying presidential orders.", "luganda": "Baavumiriddwa lwa kumenya biragiro bya mukulembezze." }, { "english": "The incident started on Sunday morning.", "luganda": "Ensonga yatandise ku makya ga ssande." }, { "english": "They had gatherings despite being warned about coronavirus.", "luganda": "Baalina enkungaana wadde nga baabalabula ku kawuka ka kolona." }, { "english": "They were arrested for having a football match.", "luganda": "Baasibwa olw'okuzannya omupiira." }, { "english": "The youth wanted to grab a gun from the police officer.", "luganda": "Abavubuka baali baagala kunyakula mmundu ku mupoliisi." }, { "english": "The police released live bullets to the crowd.", "luganda": "Poliisi yafulmya amasasi aga ddala mu bantu." }, { "english": "They transferred him to another hospital.", "luganda": "Baamukyusa ne bamutwala mu ddwaliro eddala." }, { "english": "They continued investigating the matter.", "luganda": "Baagenda mu maaso n'okunoonyereza ku nsonga." }, { "english": "The youth were advised to remain calm and composed.", "luganda": "Abavubuka baawabulwa okusigala nga bakkakkamu." }, { "english": "The police will arrest any disobedient youth.", "luganda": "Poliisi ejja kusiba abavubuka abatali beetoowaze." }, { "english": "One of the members died after the incident.", "luganda": "Omu ku kibinja yafa oluvannyuma lw'ebyaliwo." }, { "english": "The body was recovered on a Monday morning.", "luganda": "Omulambo gwalabika ku Bbalaza ku makya." }, { "english": "He was accused of stealing a motorcycle.", "luganda": "Yavunaanibwa ogw'okubba ppikippiki." }, { "english": "Her son's death saddened her.", "luganda": "Okufa kwa mutabani we kwamunakuwaza." }, { "english": "He was surprised by the death of his brother.", "luganda": "Yawuniikirizibwa okufa kwa mugandawe." }, { "english": "My brother is innocent and it will be proven in courts of law.", "luganda": "Muganda wange talina musango era kijja kukakasibwa mu kkooti z'amateeka." }, { "english": "The boy passed on without being tried.", "luganda": "Omulenzi yafa nga tannawozesebwa." }, { "english": "He was lively before he was imprisoned.", "luganda": "Yali mulamu bulungi nga tannasibwa." }, { "english": "He had bruises on his face but let us wait for the medical report.", "luganda": "Yabadde n'enkwagulo mu kyenyi kye naye ka tulinde alipoota y'abasawo." }, { "english": "The officials explained that the boy sustained injuries on his face.", "luganda": "Abakungu bannyonyola nti omulenzi yafunye ebisago mu maaso." }, { "english": "The medical report will disclose what happened to the boy.", "luganda": "Ebbaluwa y'eddwaliro ejja kulambika kiki ekyatuuse ku mulenzi." }, { "english": "The officers will be arrested if the boy was tortured.", "luganda": "Abaserikale bajja kusibibwa singa omulenzi aba nga yatulugunyizibwa." }, { "english": "The family should follow legal procedures as they lay the boy to rest.", "luganda": "Ab'enganda balina okugoberera enkola y'amateeka nga baziika omulenzi." }, { "english": "The district police commander accepted to follow up on the incident.", "luganda": "Omuserikale akulira disitulikiti yakirizza okulondoola ebyaliwo." }, { "english": "The police are waiting for the medical report from the doctor.", "luganda": "Poliisi erinda alipoota y'eddwaliro okuva ew'omusawo." }, { "english": "The boy's injuries were self-sustained.", "luganda": "Omulenzi ebisago ye yabyetuusaako." }, { "english": "The police should have protected him from himself.", "luganda": "Poliisi yandi mukumye obutabeera yekka." }, { "english": "People are recovering from coronavirus.", "luganda": "Abantu bawona akawuka ka kolona." }, { "english": "The patients will be deployed to the consulate.", "luganda": "Abalwadde bajja kutwalibbwa ku yaffesi y'omubaka w'ensi." }, { "english": "Uganda had a task of ensuring their safety.", "luganda": "Uganda yalina ekkatala ery'okukakasa nti bali bulungi." }, { "english": "People have to stay in quarantine for fourteen days.", "luganda": "Abantu balina okubeera mu kalantiini okumala ennaku kkumi na nnya." }, { "english": "Coronavirus patients are responding well to the medicine.", "luganda": "Eddagala likola bulungi ku balwadde b'akawuka ka kolona." }, { "english": "People must observe the covid nineteen guidelines.", "luganda": "Abantu balina okugoberera ebiragiro ebikwatagana ku kirwadde kya covid." }, { "english": "The government should not disclose the identity of coronavirus patients.", "luganda": "Gavumenti terina kwasanguza bikwata ku balwadde b'akawuka ka kolona." }, { "english": "The hospitals in Arua have the capacity to handle covid nineteen patients.", "luganda": "Amalwaliro mu Arua galina obusobozi obukwasaganya abalwadde ba covid-19." }, { "english": "The medical department and the people are working together to contain the virus.", "luganda": "Ekitongole ekijjanjabi wamu n'abantu bakolera wamu okusobola okufufugaza akawuka." }, { "english": "The minister commended the health practitioners for the outstanding job they are doing.", "luganda": "Minisita yeebazizza abasawo olw'omulimu omusukkulumu gwe bakola." }, { "english": "People were worried that they might contact coronavirus.", "luganda": "Abantu baali beeraliikirivu nti bayinza okukwatibwa akawuka ka kolona." }, { "english": "Ugandans are testing positive of the global pandemic in West Nile.", "luganda": "Bannayuganda mu West Nile bakakasiddwa okuba n'ekirwadde ekitawaanyizza ensi yonna." }, { "english": "The medical department should test all contacts of coronavirus patients.", "luganda": "Ekitongole ekijjanjabi kirina okukebera abatabagana n'abalwadde b'akawuka ka kolona." }, { "english": "The truck drivers are the major source of coronavirus in the country.", "luganda": "Abavuzi biroole be basinga okusibukako akawuka ka kolona." }, { "english": "People should maintain law and order.", "luganda": "Abantu balina okukuuma amateeka n'obutebenkevu." }, { "english": "The priest was badly injured.", "luganda": "Omusumba yalumiziddwa bubi nnyo." }, { "english": "The accused denied the police charges.", "luganda": "Omuwawaabirwa yeegaana emisango gya poliisi." }, { "english": "The prosecutor had motives in the case.", "luganda": "Omuwaabi wa gavumenti yalina ebigendererwa bye mu musango." }, { "english": "The accused is of old age who cannot serve a prison sentence.", "luganda": "Omuwawaabirwa mukadde nnyo tasobola kukola kibonerezo mu kkomera." }, { "english": "The judge almost failed to give a sentence because it was between priests.", "luganda": "Omulamuzi kata alemererwe okusala ekibonerezo kuba omusango gwali wakati w'abasumba." }, { "english": "There is no evidence to pin the defendant.", "luganda": "Tewali bujulizi bulumiriza muwawaabirwa." }, { "english": "The state attorney was against granting the accused a court bail.", "luganda": "Omuwolereza wa gavumenti yali awakanya eky'okweyimirira omuwawaabirwa." }, { "english": "The defendant's lawyers filed for the court bail.", "luganda": "Bannamateeka b'omuwawaabirwa baasaba okweyimirirwa mu kkooti." }, { "english": "Defence lawyers explained that their client has a right to legal processes.", "luganda": "Bannamateeka abawoloreza bannyonnyola nti mukama waabwe alina eddembe okuyita mu mitendera gy'amateeka." }, { "english": "The priest is too old for a prison sentence.", "luganda": "Kabona mukadde nnyo okubeera mu kkomera." }, { "english": "The defendant's lawyers stated that they want to see justice served.", "luganda": "Bannamateeka b'omuwawaabirwa baagamba nti baagala okulaba obwenkanya nga bukolebwa." }, { "english": "The hospital has successfully treated coronavirus patients.", "luganda": "Eddwaliro limalirizza bulungi okujjanjaba balwadde ba ssennyiga omukambwe." }, { "english": "The district task force has intercepted all the positive cases in the district.", "luganda": "Akakiiko ka disitulikiti akafuzi kayimirizza abalwadde bonna mu disitulikiti." }, { "english": "The task force has ensured that the positive cases are quarantined and treated.", "luganda": "Akakiiko akakubirizi ka kakasizza nti abalwadde bonna bateekebwa mu kalantiini n'okujjanjabibwa." }, { "english": "The medical department and the taskforce have received immense support from the government.", "luganda": "Ekitongole ekijjanjabi n'akakiiko akalabirizi bifunye obuyambi bungi nnyo okuva mu gavumenti." }, { "english": "The medical personnel have handled and contained coronavirus pandemic.", "luganda": "Abajjanjabi bakwasaganyizza n'okufufugaza ekirwadde kya ssennyiga omukambwe." }, { "english": "The minister explained that doctors are capable committed focused and experienced.", "luganda": "Minisita yannyonnyodde nti abasawo basobola beewaddeyobali ku mulamwa era bamanyirivu." }, { "english": "Health workers should have their salaries increased.", "luganda": "Abasawo balina okwongezebwa emisaala." }, { "english": "Health workers should remain dedicated because they have a big role to play.", "luganda": "Abasawo balina okusigala nga banyiikivu kubanga balina omulimu munene nnyo ogw'okukola." }, { "english": "The task force sensitized people to carry out social distancing.", "luganda": "Akakiiko akakubirizi kaasomesa abantu okukuuma amabanga wakati waabwe." }, { "english": "The health workers have been cognizant and have handled the virus effectively.", "luganda": "Abasawo babadde bamanyi kye bakola era bakutte bulungi akawuka ka ssennyiga omukambwe." }, { "english": "We analyzed the patients and did everything so that they could recover.", "luganda": "Twekenneenya abalwadde era ne tukola buli kimu basobole okuwona." }, { "english": "The doctor commended the hospital workers for performing well.", "luganda": "Omusawo yeebazizza abakozi b'eddwaliro olw'okukola obulungi." }, { "english": "Refugee leaders have been trained and equipped with skills to handle the virus.", "luganda": "Abakulembeze b'abanoonyi b'obubudamu batendekeddwa ne baweebwa obukodyo bw'okukwasaganya akawuka." }, { "english": "The religious organisations have equipped people with skills to curb the virus.", "luganda": "Ebitongole by'eddini biwadde abantu obukodyo bw'okwekuuma eri akawuka." }, { "english": "People have been educated and trained to handle the virus in Arua.", "luganda": "Abantu babanguddwa n'okutendekebwa okwenganga akawuka mu Arua." }, { "english": "The religious organisation has given training facilities to the refugee leaders.", "luganda": "Ekitongole ky'ebyenzikiriza kiwadde abakulembeze b'abanoonyi b'obubudamu ebikozesebwa mu kutendeka." }, { "english": "The organisation informed refugees on how to curb the spread of the virus.", "luganda": "Ekitongole kyamanyisa abanoonyi b'obubudamu engeri y'okuziyizamu akawuka okusaasaana." }, { "english": "The government has encouraged social distancing washing hands and putting on masks.", "luganda": "Gavumenti ekubirizza abantu okwewa amabanga okunaaba mu ngalo n'okwambala zi masiki." }, { "english": "People should not touch their eyes nose and mouth.", "luganda": "Abantu tebalina kwetwata ku maaso ennyindo n'omumwa." }, { "english": "People have to stay focused if they are to defeat the pandemic.", "luganda": "Abantu balina okusigala ku mulamwa bwe baba nga bakuwangula ekirwadde." }, { "english": "People were equipped with knowledge about and how the virus can be discarded.", "luganda": "Abantu baamanyisibwa ku kawuka n'engeri gye kayinza okomekerezebwamu." }, { "english": "The information given to the people is based on the behaviour of the virus.", "luganda": "Obubaka obuweebwa abantu bwesigamizibwa ku nneeyisa y'akawuka." }, { "english": "The district has put up hand washing terminals provided masks and sanitizers.", "luganda": "Disitulikiti etaddewo ebifo awanaabirwa engalo egabye masiki n'eddagala eritta obuwuka." }, { "english": "People asked whether the task force will be effective.", "luganda": "Abantu baabuuza oba akakiiko akakubirizi kanaakola bulungi." }, { "english": "Without this information there would be a high spread of the virus.", "luganda": "Awatali bubaka buno wandibaddewo ensaasaana y'akawuka eya waggulu." }, { "english": "The organisation established speakers to communicate with the people on the ground.", "luganda": "Ekitongole kyassaawo emizindaalo okusobola okuwuliziganya n'abantu mu bitundu." }, { "english": "The organisation provided protective equipment to the people.", "luganda": "Ekitongole kyawa abantu eby'okwekuumisa." }, { "english": "People have been encouraged to pass on the training and skills they possess.", "luganda": "Abantu bakubiriziddwa okugabana okutendekebwa n'obukodyo bwe balina." }, { "english": "People should be cognizant because the spread of the virus starts with them.", "luganda": "Abantu balina okubeera ababuufu kubanga okusaasaana kw'akawuka kutandikira ku bo." }, { "english": "The district should provide enough water to facilitate handwashing exercise in the camp.", "luganda": "Disitulikiti erina okuteekawo amazzi agamala okunaaba mu ngalo mu nkambi." }, { "english": "People should extend knowledge to people who are close to them.", "luganda": "Abantu balina okutuusa okumanya eri abantu ababali okumpi." }, { "english": "More people are contracting the virus within the area.", "luganda": "Abantu beeyongera okukwatibwa akawuka mu kitundu." }, { "english": "The refugee camp leaders have established coronavirus guidelines for the refugees.", "luganda": "Abakulembeze mu nkambi z'abanoonyiboobubudamu bataddewo ebiragiro ku kawuka ka kolona abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "The organisation plans to educate all people in the community about the virus.", "luganda": "Ekitongole kiteekateeka okusomesa abantu bonna mu kitundu ku bikwata ku kawuka ka kolona." }, { "english": "Refugees have been provided with food to eat in this pandemic.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu baweereddwa emmere ey'okulya mu kiseera eky'ekirwadde." }, { "english": "The food was distributed because the refugees are poorly fed.", "luganda": "Emmere yagabanyizibwa kubanga abanoonyi b'obubudamu baliisibwa bubi." }, { "english": "The organisation worked hand in hand with the government of Uganda.", "luganda": "Ekitongole kyakolera wamu ne gavumenti ya Uganda." }, { "english": "The organisation was targeting vulnerable people.", "luganda": "Ekitongole kyali kitunuulira ba kateeyamba." }, { "english": "The organisation has been providing relief aid to refugees for three years.", "luganda": "Ekitongole kibadde kiwa abanoonyi b'obubudamu obuyambi okumala emyaka esatu" }, { "english": "The organisation has fed not less than eight villages.", "luganda": "Ekitongole kiriisizza ebyalo ebitakka wansi wa munaana." }, { "english": "The organisation aims at providing better services to the refugees.", "luganda": "Ekitongole kiruubirira okuwa abanoonyi b'obubudamu empeereza ezisingako." }, { "english": "The refugees were excited.", "luganda": "Abanoonyi b'obubudamu baali bakyamufu." }, { "english": "The refugees were able to eat to their satisfaction.", "luganda": "Abanoonyi b'obubudamu baasobola okulya ne bakkuta." }, { "english": "People are grateful for food support from the government.", "luganda": "Abantu basanyufu olw'obuyambi bw'emmere okuva mu gavumenti." }, { "english": "The government provides enough food for refugees.", "luganda": "Gavumenti ewa abanoonyi b'obubudamu emmere emala." }, { "english": "The government decreased the number of provisions for the refugees.", "luganda": "Gavumenti yakendeeza ku bungi bw'ebintu by'ewa abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "Some people hardly have enough food to eat.", "luganda": "Abantu abamu bazibuwalirwa okufuna emmere y'okulya ebamala." }, { "english": "People have thanked God and to God be the glory.", "luganda": "Abantu beebazizza katonda era ekitiibwa kidde eri katonda." }, { "english": "People have received food health equipment skills from the organisation.", "luganda": "Abantu bafunye emmere ebikozesebwa mu byobulamu obukugu okuva mu kitongole." }, { "english": "People have nothing to eat.", "luganda": "Abantu tebalina kya kulya." }, { "english": "The government should distribute enough food for the refugees.", "luganda": "Gavumenti erina okugabira abanoonyiboobobudamu emmere emala." }, { "english": "The government should increase its budgetary allocation for the refugees.", "luganda": "Gavumenti erina okwongeza ku mbalirira gyewa abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "The organisation wants to improve the welfare of the people.", "luganda": "Ekitongole kyagala kulongoosa mbeera ya bantu." }, { "english": "The organisation acted when they saw the poor conditions prevailing around the people.", "luganda": "Ekitongole kyasitukiramu bwe kyalaba embeera y'obwavu nga yeetooloolera mu bantu." }, { "english": "They do not want people to suffer from malnutrition.", "luganda": "Tebaagala bantu kulwala lwa ndyambi." }, { "english": "The government will increase the number of food supplies for refugees.", "luganda": "Gavumenti ejja kwongeza ku bungi bw'emmere eweebwa abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "The government should fill the food gap and provide enough facilities.", "luganda": "Gavumenti erina okuziba omuwaatwa gw'emmere ewe abantu ebikozesebwa ebimala." }, { "english": "People have blessed the organisation for this great endeavour towards them.", "luganda": "Abantu basiimye ekitongole olw'ebyo bye kigezaako okubakolera." }, { "english": "The district task force has conflicts with the West Nile press association.", "luganda": "Akakiiko akakubirizi kayina obukuubagano n'ekitongole ky'amawulire ekya West Nile press association." }, { "english": "Journalists have been disbanded from the district meetings.", "luganda": "Bannamawulire bagobeddwa mu nkiiko za disitulikiti." }, { "english": "The district lacks a public relations department.", "luganda": "Disitulikiti terina kitongole kikwasaganya bantu." }, { "english": "The district chairman downplayed the significance of the media in the crisis.", "luganda": "Ssentebe wa disitulikiti yajungulula obukulu bwa bannamawulire mu kasambattuko." }, { "english": "Newspapers are very informative.", "luganda": "Empapula z'amawulire ziwa obubaka obw'omugaso." }, { "english": "What are some of the benefits of social media?", "luganda": "Migaso ki egimu ku egyo egy'emikutu gi migattabantu?" }, { "english": "Media has journalists that cover activities happening in the environment.", "luganda": "Emikutu gy'amawulire giyina bannamawulire abakwata ebikolwa ebigenda mu maaso mu bitundu." }, { "english": "News reporters should not be subjective in their service delivery.", "luganda": "Abasasi b'amawulire tebalina kuteekamu ndowooza zaabwe mu mpeereza zaabwe." }, { "english": "The media has greatly helped in extending awareness about coronavirus.", "luganda": "Emikutu gy'amawulire giyambye nnyo mu kubunyisa okumanya ku bikwata ku kawuka ka kolona." }, { "english": "The public follows up information availed by the media.", "luganda": "Abantu bagoberera obubaka obubaweereddwa emikutu gy'amawulire." }, { "english": "What kind of meetings should journalists be invited to?", "luganda": "Nkiiko ki bannamawulire mwe balina okuyitibwa?" }, { "english": "What is the role of journalists?", "luganda": "Mugaso ki ogwa bannamawulire?" }, { "english": "Media is used as a faster way of extending information to the public.", "luganda": "Emikutu gy'amawulire gikozesebwa nga engeri ennyangu ey'okusaasaanya amawulire eri abantu." }, { "english": "There is a reason why some information is not put out to the public.", "luganda": "Waliwo ensonga lwaki obubaka obumu tebuweebwayo mu bantu." }, { "english": "Journalists collect information from the public and issue it for public consumption.", "luganda": "Bannamawulire bakungaanya amawulire okuva mu bantu era ne bagawa abantu bageyambise." }, { "english": "How many media houses do we have in Uganda?", "luganda": "Tulina emikutu gy'amawulire emeka mu Uganda?" }, { "english": "With the media you can reach very many people ago.", "luganda": "Nga weeyambisa emikutu gy'amawulire osobola okutuuka ku bantu bangi omulundi gumu." }, { "english": "Cities attract investments that could lead to development.", "luganda": "Ebibuga bisikiriza okusiga ensimbi eziyinza okuleeta enkulaakulana." }, { "english": "Districts in Uganda are comprised of municipalities and counties.", "luganda": "Disitulikiti mu Uganda zikolebwa munisipaali n'amasaza." }, { "english": "Cities attract developments like the construction of roads.", "luganda": "Ebibuga bisikiriza enkulaakulana ng'okuzimba enguudo." }, { "english": "It is prestigious to have a city in your region.", "luganda": "Kya kitiibwa okubeera n'ekibuga mu kitundu kyo." }, { "english": "Cities spearhead development in the regions.", "luganda": "Ebibuga bikulemberamu enkulaakulana mu bitundu." }, { "english": "In which part of Uganda is Arua district located?", "luganda": "Disitulikiti ya Arua esangibwa mu kitundu ki ekya Uganda?" }, { "english": "Any recognisable city must have power.", "luganda": "Ekibuga kyonna ekirabikako kirina okuba n'amasannyalaze." }, { "english": "No one knows how the future shall be.", "luganda": "Tewali n'omu amanyi biseera bya mu maaso bwe binaaba." }, { "english": "Cities are planned for by the city leaders.", "luganda": "Ebibuga biteekateekerwa abakulembeze baabyo." }, { "english": "Stakeholders are engaged in different sectors of their interest.", "luganda": "Be kikwatako beenyigira mu bisaawe eby'enjawulo bye baba baagadde." }, { "english": "While making plans various factors have to be put into consideration.", "luganda": "Mu kukola enteekateeka ensonga ez'enjawulo zirina okufiibwako." }, { "english": "The public has to be sensitised on the purposes of the city establishment.", "luganda": "Abantu balina okusomesebwa ku migaso gy'okutondawo ekibuga." }, { "english": "What must be included in a city structural plan?", "luganda": "Kiki ekirina okuteekebwa mu nteekateeka y'enkula y'ekibuga?" }, { "english": "Through commercialisation one can improve his or her standards of living.", "luganda": "Mu kuyita mu bintu ebivaamu ssente omuntu asobola okulongoosa omutindo gw'obulamu bwe." }, { "english": "Improved road network shall increase the efficiency of business operations.", "luganda": "Okulongooka kw'enguuddo kujja kwongeza obulungi bw'entambuza ya bizinensi." }, { "english": "International business relations are established through the import and export of goods.", "luganda": "Enkwatagana n'amawanga mu bizinensi etondebwawo okuyita mu kuyingiza n'okufulumya ebyamaguzi mu ggwanga." }, { "english": "How accessible is Arua city from Koboko district?", "luganda": "Bwangu ki obuliwo okuva mu disitulikiti y'e Koboko okutuuka mu kibuga kya Arua?" }, { "english": "What kind of activities takes place in downtown?", "luganda": "Mirimu ki egikolebwa mu kibuga wansi?" }, { "english": "University institutions provide education services to people.", "luganda": "Ssettendekero zituusa empeereza z'eby'enjigiriza ku bantu." }, { "english": "Irregular electricity supply can greatly hinder development.", "luganda": "Amasannyalaze okuvaavaako gasobola okukugira ennyo enkulaakulana." }, { "english": "Electricity connection encourages investment.", "luganda": "Okuyungibwa ku masannyalaze kuleetawo enkulaakulana." }, { "english": "Kampala is the capital city of Uganda.", "luganda": "Kampala kye kibuga kya Uganda ekikulu." }, { "english": "Many people are employed in the industrial sector.", "luganda": "Abantu bangi abakolera mu kitongole ky'ebyamakolero." }, { "english": "The government collects revenue from the public through taxes.", "luganda": "Gavumenti ekungaanya ensimbi okuva mu bantu ng'eyita mu misolo." }, { "english": "Industries consume a lot of electricity in operating the machinery.", "luganda": "Amakolero gatwala amasannyalaze mangi mu kuddukanya ebyuma." }, { "english": "How can the cost of business be reduced?", "luganda": "Emisoso mu bizinensi giyinza kukendeezebwa gitya?" }, { "english": "Cities are usually highly populated.", "luganda": "Ebibuga bulijjo bibeeramu abantu bangi." }, { "english": "We now have more than one city in Uganda.", "luganda": "Kati tulina ebibuga ebisukka mu kimu mu Uganda." }, { "english": "A diocese is a district under the pastoral care of a bishop in the Christian church.", "luganda": "Obudyankoni kye kitundu ekiri wansi w'omwepisikoopi mu kkanisa y'ekikiristu." }, { "english": "Employers should avail retirement packages to their employees.", "luganda": "Abakozesa balina okuwa abakozi baabwe akasiimu nga bawummudde." }, { "english": "A compound fracture is also known as an open fracture.", "luganda": "Okumenyeka eggumba ne lifuluma ku ngulu era kimanyiddwa ng'okuwogoka." }, { "english": "An incident is something that has occurred.", "luganda": "Ekikolwa kye kintu ekiba kituuseewo." }, { "english": "Why should one assault a fellow elder in public?", "luganda": "Lwaki omuntu awebuula mukulu munne mu lujjudde." }, { "english": "People shade tears sometimes because of pain.", "luganda": "Abantu bakulukusa amaziga ebiseera ebimu olw'obulumi." }, { "english": "An assault is a criminal offence.", "luganda": "Okuwebuula omuntu musango." }, { "english": "An assault is an act of inflicting physical harm on someone.", "luganda": "Okuwebuula kikolwa ekireeta okulumya omubiri gw'omuntu." }, { "english": "Police help in conflict resolution.", "luganda": "Poliisi eyambako mu kumalawo obukuubagano." }, { "english": "Priests usually stay near or within the church premises.", "luganda": "Ba kabona batera okusula okumpi n'amasinzizo oba mu mbuga z'amasinzizo." }, { "english": "Priests are appointed and allocated a church to serve in.", "luganda": "Ba kabona balondebwa era ne baweebwa ekkanisa ey'okuweerezaamu." }, { "english": "Liberty is the freedom one has to do something.", "luganda": "Ebbeetu ly'eddembe omuntu ly'ayina okukola ekintu ekimu." }, { "english": "One has a right to speak whenever they want.", "luganda": "Omuntu alina obuweebwa okwogera wonna w'abayagalidde." }, { "english": "News travels faster than you expect.", "luganda": "Amawulire gatambula mangu okusinga bw'osuubira." }, { "english": "A witness is one with concrete evidence that actually something happened.", "luganda": "Omujulizi y'oyo alina obujulizi obwanamaddala obulaga nti ddala ekintu kyabaddewo." }, { "english": "Religious leaders should be obedient and disciplined.", "luganda": "Abakulembeze b'eddiini balina okuba abeetoowaze ate nga ba mpisa." }, { "english": "Being rebellious is not good.", "luganda": "Okubeera n'eggume si kirungi." }, { "english": "The Bishop has authority over the priests and deacons.", "luganda": "Omulabirizi alina obuyinza ku ba kabona n'abadinkoni." }, { "english": "Forgive and love one another.", "luganda": "Musonyiwagane era mwagalane." }, { "english": "Limited contacts with various people limit one's exposure to contracting diseases.", "luganda": "Obuteetaba na bantu bangi kikendeeza obulabe bw'omuntu okukwatibwa endwadde." }, { "english": "People from other countries are allowed to enter Uganda.", "luganda": "Abantu okuva mu nsi endala bakkirizibwa okuyingira mu Uganda." }, { "english": "Cargo trucks carry and transport products.", "luganda": "Ebimmotoka by'emigugu byetikka era ne bitambuza eby'amaguzi." }, { "english": "Be mindful of whom you interact with.", "luganda": "Wegendereze ani gw'okwatagana naye." }, { "english": "A healthy life is worth more than money.", "luganda": "Obulamu obulungi businga ssente omugaso." }, { "english": "Cargo drivers need to ensure the safety of the goods they are transporting.", "luganda": "Abavuzi b'emigugu beetaaga okukakasa nti ebyamaguzi bye batambuza biri bulungi." }, { "english": "Treatment is available for infected people.", "luganda": "Obujjanjabi webuli eri abakwatiddwa obulwadde." }, { "english": "Testing confirms whether one is infected with a disease or not.", "luganda": "Okukebera kukakasa oba omuntu yakwatiddwa endwadde oba nedda." }, { "english": "We can only overcome if we are one.", "luganda": "Tusobola kuwangula singa tuli kimu." }, { "english": "We can hardly achieve anything unless we work together.", "luganda": "Tetusobola kubaako kye tutuukako okuggyako nga tukolera wamu." }, { "english": "Mobilisation can be done in different ways.", "luganda": "Okukunga kusobola okukolebwa mu ngeri ez'enjawulo." }, { "english": "A task force is a unit especially organised for a task.", "luganda": "Akakiiko akakubirizi kabondo akateekeddwawo okukola ekkatala." }, { "english": "The public is urged to comply with the set lockdown guidelines.", "luganda": "Abantu bakubiriziddwa okukolera ku biragiro by'omuggalo ebyateekebwawo." }, { "english": "Referral hospitals manage patients wellbeing.", "luganda": "Amalwaliro agasindikibwamu abayi galabirira bulungi abalwadde." }, { "english": "One becomes a patient if they hold symptoms of a certain disease.", "luganda": "Omuntu afuuka omulwadde singa abeera n'obubonero bw'obulwadde obumu." }, { "english": "Cctv cameras help reinforce security in an area.", "luganda": "Kamera enkessi ziyamba okunyweza eby'okwerinda mu kitundu." }, { "english": "Donations should serve the required purpose.", "luganda": "Obuyambi bulina okukola omulimu ogwabwetaagisa." }, { "english": "What is the role of the office of prime minister in Uganda?", "luganda": "Woofiisi ya ssaabaminisita erina mulimu ki mu Uganda?" }, { "english": "Money is required in the effort of fighting against diseases.", "luganda": "Ssente zeetaagisa mu kawefube w'okulwanyisa endwadde." }, { "english": "Any government expenditure must be budgeted for.", "luganda": "Buli nsaasaanya ya gavumenti erina okubeera mu mbalirira." }, { "english": "Food was mainly given to the elderly the disabled and pregnant women.", "luganda": "Emmere yasinga kuweebwa bakadde abaliko obulemu n'abakyala b'embuto." }, { "english": "Which kinds of people are considered vulnerable in society?", "luganda": "Bika bya bantu ki ababalibwa nga ba kateeyamba mu kitundu?" }, { "english": "Very few boda boda riders have new motorcycles.", "luganda": "Abavuzi ba booda booda batono nnyo abalina ppikipiki empya." }, { "english": "Jail is a place of confinement of people convicted of a crime.", "luganda": "Ekkomera kye kifo ewasibirwa abantu abasingisiddwa emisango." }, { "english": "Avoid misappropriation of funds.", "luganda": "Mwewale okukozesa obubi ensimbi." }, { "english": "Money serves very many purposes.", "luganda": "Ssente zikola emirimu mingi nnyo." }, { "english": "Religious leaders keep encouraging us to ensure transparency in all we do.", "luganda": "Abakulembeze b'eddiini batukubiriza okubeera abeerufu mu byonna bye tukola." }, { "english": "Public resources are accounted for.", "luganda": "Ebintu bya gavumenti bibalirirwa." }, { "english": "People cannot live without food.", "luganda": "Abantu tebasobola kubaawo awatali mmere." }, { "english": "Money must be accounted for.", "luganda": "Ssente zirina okubalirirwa" }, { "english": "A supplementary budget is passed by parliament.", "luganda": "Ennyongereza y'embalirira eyisibwa paalamenti." }, { "english": "A national supplementary budget is passed by parliament.", "luganda": "Ennyongereza ku mbalirira y'eggwanga eyisibwa paalamenti." }, { "english": "How many referral hospitals do we have in Uganda?", "luganda": "Tuyina amalwaliro ameka awasindikibwa abalwadde mu Uganda?" }, { "english": "What are some of the symptoms of coronavirus disease?", "luganda": "Obumu ku bubonero bw'obulwadde obw'akawuka ka ssennyiga omukambwe bwe buliwa?" }, { "english": "The elderly still serve a purpose in the community.", "luganda": "Abakadde bakyalina omulimu mu bantu." }, { "english": "Everyone contributed according to their capacity.", "luganda": "Buli omu yawaayo okusinziira ku busobozi bwe." }, { "english": "Exile is when one is barred from their country for political purposes.", "luganda": "Okuwanganguka ye muntu okukugirwa okudda mu ggwanga lye olw'ebyobufuzi." }, { "english": "Use every available opportunity to get to what you want.", "luganda": "Kozesa buli mukisa okufuna ky'oyagala." }, { "english": "It is very hard to meet with the president of the country.", "luganda": "Kizibu nnyo okusisinkana n'omukulembeze w'eggwanga." }, { "english": "Special people make donations to charity organisations.", "luganda": "Abantu ab'enjawulo bawaayo obuyambi mu bitongole ebiyambi." }, { "english": "Anyone is free to donate.", "luganda": "Buli omu wa ddembe okuyamba." }, { "english": "Donations can be of any form.", "luganda": "Obuyambi buyinza okuba obw'ekikula kyonna." }, { "english": "One good turn deserves another.", "luganda": "Ekirungi ekimu kyetaaga ekirala." }, { "english": "One must have an appointment to meet with the president.", "luganda": "Omuntu yenna alina okuba n'akalagaane okusisinkana n'omukulembeze w'eggwanga." }, { "english": "It is not very easy is to meet with the president.", "luganda": "Si kyangu nnyo okusisinkana n'omukulembeze w'eggwanga." }, { "english": "We donate for a particular cause.", "luganda": "Tuwaayo obuyambi olw'ensonga ezimu." }, { "english": "It is good to express gratitude.", "luganda": "Kirungi okulaga okusiima." }, { "english": "Why should I support the government?", "luganda": "Lwaki nnina okuwagira gavumenti?" }, { "english": "God cannot curse people.", "luganda": "Katonda tasobola kukolimira bantu." }, { "english": "You do not have to have much to give.", "luganda": "Toyina kuba na bingi okugaba." }, { "english": "Enormous is used to mean huge.", "luganda": "Ekingi kikozesebwa kutegeega ekinene." }, { "english": "Families must be united.", "luganda": "Amaka galina okubeera obumu." }, { "english": "Once you do something inappropriate please apologise.", "luganda": "Buli lw'okola ekintu ekitali kituufu bambi weetonde." }, { "english": "Institutions have been used as quarantine centres.", "luganda": "Amasomero gakozeseddwa ng'ebifo omwawulibwa abalwadde." }, { "english": "The cathedral and the diocesan offices are usually in the same premises.", "luganda": "Woofiisi z'obusumba n'ez'obudyankoni zitera zitera kubeera mu kifo kye kimu." }, { "english": "Respect other people's decisions.", "luganda": "Wa ekitiibwa ensalawo y'abalala." }, { "english": "The police intervene in anything that threatens the peace of society.", "luganda": "Poliisi yenyigira mu kintu kyonna ekitabangula eddembe mu kitundu." }, { "english": "Patients are quarantined for health purposes.", "luganda": "Abalwadde bateekebwa mu kalantiini lwa nsonga za bya bulamu." }, { "english": "Forceful taking of things is a sign of disrespect.", "luganda": "Okutwala ebintu ku mpaka kabonero ka bujoozi." }, { "english": "Seek permission from rightful owners.", "luganda": "Funa olukusa okuva mu bannannyini abatuufu." }, { "english": "Nursing schools train medical personnel.", "luganda": "Amasomero g'obusawo gatendeka abasawo." }, { "english": "Interviews can be done via a telephone call.", "luganda": "Yintaviyu zisobola okukolebwa okuyita ku ssimu." }, { "english": "Urgent matters usually arise pressure.", "luganda": "Ensonga e'zembagirawo zitera okuleetawo obunkenke." }, { "english": "Challenges faced can be resolved.", "luganda": "Okusomoozebwa okusangibwa kusobola okuvvuunukibwa." }, { "english": "The task force group was split up.", "luganda": "Akakiiko akakubirizi kaayawuddwamu." }, { "english": "An appeal should be put in writing.", "luganda": "Okujulira kulina okuteekebwa mu buwandiike." }, { "english": "People do not easily welcome change.", "luganda": "Abantu tebamala gaaniriza nkyukakyuka." }, { "english": "Poor quality products cannot last long on the market.", "luganda": "Eby'amaguzi eby'omutindo omubi tebisobola kulwa ku katale." }, { "english": "Be faithful in all you do.", "luganda": "Ba mwesigwa mu byonna by'okola." }, { "english": "It is essential to keep records.", "luganda": "Kya mugaso okukuuma ebiwandiiko." }, { "english": "Poor quality products rarely perform as expected.", "luganda": "Ebintu eby'omutindo omubi tebitera kukola nga bwe bisuubirwa." }, { "english": "Your accountable to everything that you do.", "luganda": "Ovunaanyizibwa ku buli kintu ky'okola." }, { "english": "To retaliate is to give back.", "luganda": "Okuwoolera kuba kuddiza." }, { "english": "Employees are representatives of the organisation.", "luganda": "Abakozi be bakiise b'ekitongole." }, { "english": "What causes people to demonstrate?", "luganda": "Ki ekireetera abantu okwekalakaasa?" }, { "english": "How can one be transparent?", "luganda": "Omuntu abeera atya omwerufu?" }, { "english": "Government money is often embezzled.", "luganda": "Ssente za gavumenti zitera okukumpanyizibwa." }, { "english": "How can leaders manage the coronavirus situation?", "luganda": "Abakulembeze bayinza batya okukwasaganya embeera y'akawuka ka kolona?" }, { "english": "What is the role of the military?", "luganda": "Mulimu ki ogwa miritale?" }, { "english": "There is an initial stage for every process.", "luganda": "Waliwo entandikwa ku buli mugendo." }, { "english": "In the meeting the task force was encouraged to work harder.", "luganda": "Mu lukiiko akakiiko akakubirizi kaakubirizibwa okwongeramu amaanyi." }, { "english": "Why should anyone seek cheap popularity?", "luganda": "Lwaki omuntu aba ayagala okwessa mu butaala?" }, { "english": "Veterinary relates to the treatment of farm and domestic animals.", "luganda": "Okulabirira obulamu bw'ebisolo kikwatagana ku kujjanjaba ebisolo by'omu faamu n'ebyewaka." }, { "english": "Animals also need to be kept healthy.", "luganda": "Ensolo nazo zeetaaga okuumibwa nga nnamu." }, { "english": "Planting seeds is one way of preserving the environment.", "luganda": "Okusimba ensigo yemu ku ngeri ey'okukuuma obutonde bw'ensi." }, { "english": "Water and alcohol-based sanitizers are used in the prevention of coronavirus.", "luganda": "Sanitayiza ezikolebwa mu mazzi n'omwenge zikozesebwa mu kuziyiza akawuka ka kolona." }, { "english": "The veterinary association is comprised of veterinary doctors.", "luganda": "Ekibiina ky'abalabirira obulamu bw'ebisolo kibeeramu abasawo b'ebisolo." }, { "english": "Why are there very many refugees in Uganda?", "luganda": "Lwaki mu Uganda mulimu abanoonyiboobubudamu bangi nnyo." }, { "english": "You can hold a conversation via the telephone.", "luganda": "Osobola okunyumiza ku ssimu." }, { "english": "Care and conserve the environment.", "luganda": "Labirira era okuume obutonde bw'ensi." }, { "english": "Anyone can celebrate anything.", "luganda": "Omuntu yenna asobola okujaguza ekintu kyonna." }, { "english": "The veterinary office shall be responsible for treating all animals in the village.", "luganda": "Woofiisi y'abasawo b'ebisolo ejja kuvunaanyizibwa ku kujjanjaba ensolo zonna ku kyalo." }, { "english": "Social media platforms help reach a wider network of people.", "luganda": "Emikutu gi mugattabantu giyamba okutuuka ku bantu abangi." }, { "english": "International contributions are welcome.", "luganda": "Obuyambi okuva ebweru w'eggwanga bwanirizibwa." }, { "english": "Advocates legally operate under the law.", "luganda": "Bapuliida bakolera wansi w'amateeka." }, { "english": "What were the president's directives this time round?", "luganda": "Biragiro ki ku guno omulundi pulezidenti bye yawa?" }, { "english": "Our organisation contributed a million-dollar towards the fight against corona.", "luganda": "Ekitongole kyaffe kyawayo akakadde ka ddoola mu kaweefube w'okulwanyisa ssenyiga omukambwe." }, { "english": "Be honest and transparent please.", "luganda": "Beera mwesimbu ate omwerufu bambi." }, { "english": "Everyone contributes what they can.", "luganda": "Buli omu awaayo ky'asobola." }, { "english": "Leaders contributed money towards the hospital construction.", "luganda": "Abakulembeze baawaayo ssente ku kuzimba eddwaliro." }, { "english": "How can we enhance economic development?", "luganda": "Tuyinza tutya okutumbula enkulaakulana mu by'enfuna?" }, { "english": "Some decisions were reached at by the committee.", "luganda": "Okusalawo okumu kwatuukibwako akakiiko." }, { "english": "Treasurers are trusted with money.", "luganda": "Abawanika beesigibwa ne ssente." }, { "english": "His family members urged him to stop smoking.", "luganda": "Abo mu makaage baamusaba okukomya okunywa sigala." }, { "english": "Coronavirus affects smokers more.", "luganda": "Akawuka ka ssennyiga omukambwe kakosa nnyo abanywi ba sigala okusinga." }, { "english": "What is the function of the respiratory system in the body?", "luganda": "Omuyungiro gw'ebitundu ebissa mu mubiri gulina mugaso ki?" }, { "english": "Smokers usually end up with rotten lungs.", "luganda": "Abanywi ba sigala emirundi egisinga bakomekkereza bavunze amawuggwe." }, { "english": "School children are warned against smoking.", "luganda": "Abaana b'amasomero baalabuddwa obutanywa sigala." }, { "english": "A person with low immunity can easily be infected with diseases.", "luganda": "Omuntu alina abasirikale abanafu mu mubiri asobola okukwatibwa mangu endwadde." }, { "english": "Smokers should be mindful of their health.", "luganda": "Abanywi ba sigala balina okufaayo ennyo ku bulamu bwabwe." }, { "english": "Lungs help us in breathings.", "luganda": "Amawuggwe gatuyamba mu kussa." }, { "english": "The colonialists introduced tobacco production in Uganda.", "luganda": "Abafuzi b'amatwale be baaleeta okulima taaba mu Uganda." }, { "english": "How much does a tobacco cigarette cost?", "luganda": "Sigala wa taaba agula ssente mmeka?" }, { "english": "Some people start smoking due to peer influence.", "luganda": "Abantu abamu batandika okunywa sigala olw'okusikirizibwa emikwano." }, { "english": "The standard operating procedures were set to control the spread of coronavirus.", "luganda": "Amateeka agagobererwa gaateekebwawo okutangira okusaasaana kw'akawuka ka kolona." }, { "english": "The health minister demanded a health report.", "luganda": "Minisita w'ebyobulamu yabanja alipoota y'ebyobulamu." }, { "english": "Tobacco smoke weakens our lungs.", "luganda": "Omukka gwa taaba kunafuya amawuggwe gaffe." }, { "english": "You should stop smoking cigarettes in public places.", "luganda": "Olina okukomya okufuuweetera ssigala mu bifo by'olukale." }, { "english": "The needy need food.", "luganda": "Abali mu bwetaavu beetaaga emmere." }, { "english": "Man has to eat food to survive.", "luganda": "Omuntu alina okulya emmere okusobola okubaawo." }, { "english": "What is a community?", "luganda": "Ekitundu kye ki?" }, { "english": "Appreciate others for their support.", "luganda": "Siima abalala olw'obuyambi bwabwe." }, { "english": "Journalists create a dialogue by asking questions to the interviewee.", "luganda": "Bannamawulire batondawo emboozi nga bayita mu kubuuza ebibuuzo." }, { "english": "Who are the right beneficiaries for food?", "luganda": "Baani abaganyulwa mu mmere abatuufu?" }, { "english": "Support one another in the community.", "luganda": "Muwagiraganenga mu kitundu." }, { "english": "Donations usually target the needy people.", "luganda": "Obuyambi butera kuluubirira bali mu bwetaavu." }, { "english": "Updates validate the available information.", "luganda": "Okumanya ebipya kikakasa amawulire agaliwo." }, { "english": "People lose lives every day.", "luganda": "Abantu bafa buli lunaku." }, { "english": "Over the years he has suffered from a heart attack.", "luganda": "Amaze emyaka nga atawaanyizibwa okwesiba kw'omutima." }, { "english": "Bodabodas can also be used to transport patients.", "luganda": "Aba booda booda basobola okukozesebwa mu kutambuza abalwadde." }, { "english": "Most referral hospitals are government hospitals.", "luganda": "Amalwaliro awasindikibwa abalwadde agasinga ga gavumenti." }, { "english": "The lockdown restrictions made transport difficult.", "luganda": "Obukugire bw'omuggalo bwakalubya entambula." }, { "english": "How can one access ambulance services?", "luganda": "Omuntu ayinza atya okufuna empeereza y'emmotoka ezitambuza abalwadde?" }, { "english": "Why do ambulances arrive late?", "luganda": "Lwaki emmotoka ezitambuza abalwadde zituuka kikeerezi?" }, { "english": "Time management should be taken seriously.", "luganda": "Enkwata y'obudde erina okutwalibwa nga nkulu." }, { "english": "Wheelchairs are often used by the lame.", "luganda": "Obugaali bw'abalema butera kukozesebwa balema." }, { "english": "The response is a form of feedback.", "luganda": "Okwanukula ngeri ya kuzzaamu bubaka." }, { "english": "What is the role of health centre management?", "luganda": "Mugaso ki ogw'abaddukanya awajjanjabirwa?" }, { "english": "Ambulances are found at health centres.", "luganda": "Emmotoka ezitambuza abalwadde zisangibwa ku malwaliro." }, { "english": "Ambulances pick and take patients to the hospital.", "luganda": "Ambyulensi zinona n'okutwala abalwadde mu ddwaliro." }, { "english": "The district health officer authorises ambulance services at the district.", "luganda": "Omukungu wa disitulikiti ow'ebyobulamu y'akkiriza obuweereza bw'ambyulensi ku disitulikiti." }, { "english": "Ambulance services involve bureaucratic processes at the district.", "luganda": "Empeereza z'emmotoka ezitambuza abalwadde zirimu okugoberera emitendera ku disitulikiti." }, { "english": "Some patients have problems moving to hospitals.", "luganda": "Abalwadde abamu balina obuzibu bw'okutambula okugenda mu ddwaliro." }, { "english": "Every patient is supposed to go to referral hospitals with a medical attendant.", "luganda": "Buli mulwadde ateekeddwa okugenda mu malwaliro awasindikibwa abalwadde n'omujjanjabi." }, { "english": "The ambulance is unreliable.", "luganda": "Ambyulensi teyeesigika." }, { "english": "The nurse is worried about the situation of the patients.", "luganda": "Nnansi yeeraliikiridde ku mbeera y'abalwadde." }, { "english": "The nurse provided some first aid to the patient.", "luganda": "Nnansi yawadde omulwadde obujjanjabi obusookerwako." }, { "english": "The patient was given food to gain strength.", "luganda": "Omulwadde yaweereddwa emmere afune amaanyi." }, { "english": "The patient should be taken to a better hospital.", "luganda": "Omulwadde alina okutwalibwa mu ddwaliro erisingako." }, { "english": "The relatives will strive and take their patient to another hospital.", "luganda": "Ab'enganda bajja kwerwanako batwale omulwadde waabwe mu ddwaliro eddala." }, { "english": "The patient got medical treatment from the referral hospital.", "luganda": "Omulwadde yafuna obujjanjabi okuva mu ddwaliro awasindikibwa abayi" }, { "english": "The district officials were unhappy with the help of the nurse towards the patient.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti tebaali basanyufu na buyambi omusawo bwe yawadde omulwadde." }, { "english": "The district leaders were irritated because the act shows their incapability.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti baanyiiga kubanga ekikolwa kiraga obunafu bwabwe." }, { "english": "The task force has failed to efficiently and effectively plan for the district.", "luganda": "Akakiiko akafuzi kalemereddwa okuteekateekera disitulikiti mu bwangu era mu bulungi." }, { "english": "The people do not have hope in the leadership at the district.", "luganda": "Abantu tebakyalina ssuubi mu bukulembeze ku disitulikiti." }, { "english": "The man died in hospital.", "luganda": "Omusajja yafiira mu ddwaliro." }, { "english": "She did everything to save her life.", "luganda": "Yakola buli kimu okuwonya obulamu bwe." }, { "english": "Health workers will not be intimidated because their duty is to provide health services.", "luganda": "Abasawo tebajja kutiisibwatiisibwa kubanga omulimu gwabwe kugaba mpeereza za bujjanjabi." }, { "english": "Non-government organisations have been forced to participate in containing the virus.", "luganda": "Ebitongole bya nakyewa bikakiddwa okwetaba mu kutangira akawuka." }, { "english": "The district lacks funds do facilitate service provision.", "luganda": "Disitulikiti terina nsimbi za kuddukanya buweereza." }, { "english": "Organisations which help the district will be rewarded while those who fail will be penalized.", "luganda": "Ebitongole ebiyamba ku disitulikiti bijja kusiimibwa so nga ebyo ebiremereddwa bya kubonerezebwa." }, { "english": "The district received aid at the district level.", "luganda": "Disitulikiti yafuna obuyambi ku ddaala lya disitulikiti." }, { "english": "The district acquired protective materials for Covid nineteen.", "luganda": "Disitulikiti yafuna eby'okwesabika eri ekirwadde kya covid." }, { "english": "The district and the organisation have got a standing relationship.", "luganda": "Disitulikiti n'ekitongole birina enkolagana ennywevu." }, { "english": "The district received soap which will help in facilitating hand washing.", "luganda": "Disitulikiti yafuna sabbuuni ajja okuyamba mu kunaaba engalo." }, { "english": "The district needs people to work together and contain the virus.", "luganda": "Disitulikiti yetaaga abantu okukolera awamu okufufugaza akawuka." }, { "english": "The district called upon all stakeholders to help in handling the virus.", "luganda": "Disitulikiti yayitayo abo be kikwatako bonna okulwanyisa akawuka." }, { "english": "The district explained why health workers need to be supported.", "luganda": "Disitulikiti yannyonnyola lwaki abasawo beetaaga okuwagirwa.." }, { "english": "The district will ensure proper distribution allocation and accountability.", "luganda": "Disitulikiti ejja kufaayo ku kubunyisa okugabanya n'embalirira." }, { "english": "The health workers have obtained the protective equipment used in treating patients.", "luganda": "Abasawo bafunye eby'okwesabika ebinaakozesebwa mu kujjanjaba abalwadde." }, { "english": "The district needs to establish ambulance services in the area.", "luganda": "Disitulikiti yetaaga okuteekawo empeereza y'ambyulensi mu kitundu." }, { "english": "The district has to improve service delivery at the district.", "luganda": "Disitulikiti erina okulongoosa obuweereza ku disitulikiti." }, { "english": "The district has to mobilize and inform people about the spread of covid nineteen.", "luganda": "Disitulikiti erina okukunga abantu n'okubasomesa ku kusaasaanyizibwa kwa ssennyiga omukambwe." }, { "english": "The government has delayed transferring funds to the district.", "luganda": "Gavumenti eruddewo okusindikaa ssente ku disitulikiti." }, { "english": "The police should be brought into play to enforce the covid nineteen guidelines.", "luganda": "Poliisi eteekeddwa okuleetebwa mu nkola ekwasise ebiragiro ebyasibwawo okulwanyisa ssenyiga omukambwe." }, { "english": "The district should deploy more officers to arrest people who do not follow the guidelines.", "luganda": "Disitulikiti eteekwa okusindika abakungu abalala okukwata abantu abatagoberera biragiro." }, { "english": "People are at risk of contracting the virus.", "luganda": "Abantu bali ku bunkenke bw'okukwatibwa akawuka." }, { "english": "The Christians are still conducting prayers and are not afraid of the virus.", "luganda": "Abakulisitu bakyasaba era nga tebatidde kukwatibwa kawuka." }, { "english": "People are not concerned about the existence of the coronavirus.", "luganda": "Abantu tebafuddeeyo ku kubeerawo kw'akawuka ka ssennyiga omukambwe." }, { "english": "Some people are still engaging in public gatherings.", "luganda": "Abantu abamu bakyetaba mu nkungaana ez'olukale." }, { "english": "The district should inform people about the dangers of coronavirus.", "luganda": "Disitulikiti eteekeddwa okumanyisa abantu obulabe obuli mu kawuka ka kolona." }, { "english": "People should have respect for their lives and those of others.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okuwa obulamu bwabwe ekitiibwa n'obwabalala." }, { "english": "The people should engage in activities that control the spread of the virus.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okwetaba mu bikolwa ebiziyiza okusaasaana kw'akawuka ka ssennyiga omukambwe." }, { "english": "The people who did not heed the presidential directives were warned.", "luganda": "Abantu abatafaayo ku biragiro bya pulezidenti baalabulwa." }, { "english": "Everyone should follow the covid nineteen guidelines.", "luganda": "Buli omu ateekeddwa okugoberera ebiragiro ebikwata ku ssennyiga omukambwe." }, { "english": "Anyone who does not respect the guidelines will be arrested.", "luganda": "Buli yenna atagondera biragiro ajja kusibibwa." }, { "english": "The religious leaders are not above the law and should follow the health guidelines.", "luganda": "Abakulembeze b'eddiini tebali waggulu w'amateeka era balina okugoberera ebiragiro eby'abobulamu" }, { "english": "Arua diocese heed to the guidelines and the church activities were suspended.", "luganda": "Obulabirizi bwa Arua tebwafaayo ku biragiro era emirimu gy'ekkanisa ne giwummuzibwa." }, { "english": "The police have failed to enforce the coronavirus guidelines effectively.", "luganda": "Poliisi eremereddwa okukwasisa obulungi ebiragiro by'akawuka ka kolona." }, { "english": "The district and police should communicate to the people before they take action.", "luganda": "Poliisi ne disitulikiti biteekeddwa okutegeeza abantu nga tebannabaako kye bakolawo." }, { "english": "The police have started arresting people who have not followed the established procedures.", "luganda": "Poliisi etandise okusiba abantu abatagoberedde mateeka agaateekebwawo." }, { "english": "People are more concerned about their businesses and not their lives.", "luganda": "Abantu byafaayo nnyo ku bizinensi zaabwe okusinga obulamu bwabwe." }, { "english": "Leaders have not sensitized and mobilised people enough.", "luganda": "Abakulembeze tebamanyisizza bantu na ku bakunga kimala." }, { "english": "The police have confiscated property of people who have failed to obey the directives.", "luganda": "Poliisi eboye ebintu by'abantu abalemereddwa okugondera ebiragiro." }, { "english": "People will be forced to obey the covid nineteen directives.", "luganda": "Abantu bajja kukakibwa okugondera ebiragiro bya ssenyiga omukambwe." }, { "english": "People who are giving out inaccurate information about the virus will be arrested.", "luganda": "Abantu abawaayo amawulire agatali matuufu ku kawuka bajja kusibwa." }, { "english": "People do not believe that the established guidelines will control the virus.", "luganda": "Abantu tebakkiriza nti amateeka agaateekebwawo gajja kuziyiza akawuka." }, { "english": "The hospital has limited its accessibility to only specific people.", "luganda": "Eddwaliro likirizaako abantu batono okuliyingiramu." }, { "english": "People want to help their friends who need support.", "luganda": "Abantu baagala okuyamba mikwano gyabwe egyetaaga obuyambi." }, { "english": "The hospital management does not want people to congest in the hospital wards.", "luganda": "Abaddukanya eddwaliro tebaagala bantu kwefuutiika mu bisenge by'abalwadde." }, { "english": "No one is allowed in the hospital premises without proper hand washing and sanitizing.", "luganda": "Tewali akkirizibwa mu ddwaliro nga tanaabye bulungi ngalo na kukozesa sanitayiza." }, { "english": "The hospital should limit the number of visitors in the hospital wards.", "luganda": "Eddwaliro liteekeddwa okukendeeza ku nnamba y'abagenyi abagenda mu woodi z'eddwaliro." }, { "english": "The hospital has put forward various guidelines to combat the virus.", "luganda": "Eddwaliro litaddewo ebiragiro eby'enjawulo okulwanyisa akawuka." }, { "english": "No one is allowed to deliver food personally for admitted patients.", "luganda": "Tewali n'omu akkirizibwa kutwalira balwadde ku bitanda mmere." }, { "english": "The ministry of health directed all hospitals to restrict the entry of people.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu yalagira amalwaliro gonna okumyumyula ku bantu abayingira." }, { "english": "Every patient will have one attendant strictly.", "luganda": "Buli mulwadde ajja kuba n'omujjanjabi omu yekka." }, { "english": "The ministry wanted to prevent hospitals from harbouring the disease.", "luganda": "Minisitule yali eyagala kuziiyiza malwaliro okukungaanya obulwadde." }, { "english": "All hospitals are in emergencies.", "luganda": "Amalwaliro gonna gali mu bwerinde." }, { "english": "The hospitals will no longer provide health services for simple illnesses.", "luganda": "Amalwaliro tegajja kuba na kujjanjaba bulwadde bwangungu." }, { "english": "Patients who recover quickly are discharged to create space in the wards.", "luganda": "Abalwadde abawona amangu basiibulwa okusobola okusigazaawo ebifo mu zi waadi." }, { "english": "Some people lost their lives as they tried to break out of prison.", "luganda": "Abantu abamu baafiirwa obulamu bwabwe nga bagezaako okutoloka mu kkomera." }, { "english": "The police are still searching for ten other inmates who escaped.", "luganda": "Poliisi ekyanoonya abasibe abalala kkumi abaatoloka." }, { "english": "The security at the prison was lax.", "luganda": "Obukuumi ku komera tebwali bw'amaanyi." }, { "english": "Some prisoners wanted to runway from coronavirus.", "luganda": "Abasibe abamu baayagala okudduka akawuka ka kolona." }, { "english": "The police will make sure that the remaining prisoners are recaptured.", "luganda": "Poliisi ejja kufuba okulaba nti abasibe abasigadde bakwatibwa." }, { "english": "The prisoners are living in poor conditions.", "luganda": "Abasibe bawangalira mu mbeera mbi." }, { "english": "Prisoners were discontented.", "luganda": "Abasibbe tebaali bamativu." }, { "english": "The prisoners could no longer endure the congestion in prison.", "luganda": "Abasibe baali tebakyayinza kwebeera mugoteeko oguli mu kkomera." }, { "english": "The patron of the escapees remained behind.", "luganda": "Eyakulemberamu abaatoloka mu kkomera yasigala mabega." }, { "english": "The Uganda prison service heed to the presidential directives.", "luganda": "Ekitongole ky'amakomera kyafaayo ku biragiro by'omukulembeze w'eggwanga." }, { "english": "The Uganda Prison service should recruit more security officers.", "luganda": "Ekitongole ky'amakomera kiteekeddwa okuyingiza abaserikale abalala." }, { "english": "Christian based organisations have also rendered support to the district.", "luganda": "Ebitongole eby'esigamye ku bukulisitu nabyo biwaddeyo obuyambi eri disitulikiti." }, { "english": "The Christian organisation established a handwashing point at the orphanage.", "luganda": "Ekitongole ky'abakulisitu kyateekawo awanaabirwa engalo mu bamulekwa." }, { "english": "The health officer explained that they are ready to battle with the virus.", "luganda": "Omukungu w'ebyobulamu yannyonyodde nti beetegefu okulwanyisa akawuka." }, { "english": "The municipal council has ensured that hand washing terminals are all over the place.", "luganda": "Akakiiko ka munisipaali kafuba okubunyisa awanaabirwa engalo buli wamu." }, { "english": "The market management has been directed to display sanitizers to control the virus.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya akatale kaalagiddwa okulaga zi sanitayiza okwewala okusaasaana kw'akawuka." }, { "english": "People were told to embrace handwashing sanitizing and social distancing.", "luganda": "Abantu baagambibwa okwaniriza okunaaba mu ngalo okukozesa sanitayiza n'okwewa amabanga." }, { "english": "Local organisations are increasing on the number of handwashing terminals in the area.", "luganda": "Ebitongole mu bitundu byeyongedde okussaawo ebifo ewanaabirwa engalo mu kitundu." }, { "english": "The people should be ready for the virus before it reaches the district.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okwetegekera akawuka nga tekannatuuka mu disitulikiti." }, { "english": "The market management will work with the people to facilitate safety in the market.", "luganda": "Abaddukanya akatale bajja kukolagana n'abantu okuteekawo obutebenkevu mu katale." }, { "english": "The prison authorities identified the master planner of the prison escape.", "luganda": "Ab'obuyinza mu kkomera baazuula eyakuulira okutoloka mu kkomera." }, { "english": "A convict of life imprisonment was the architect of the escape plan.", "luganda": "Gwe baasiba amayisa ye yabaga entegeka y'okutoloka." }, { "english": "He convinced prisoners that they needed to do something about their unfair situation.", "luganda": "Yamatiza abasube nti beetaaga okubaako kye bakolawo ku mbeera y'onutali bwenkanya." }, { "english": "There were many security gaps at the prison.", "luganda": "Waaliwo ebituli bingi mu by'okwerinda by'ekomera." }, { "english": "Some prisoners were killed on the spot while others succeeded in their attempt.", "luganda": "Abasibe abamu baabattirawo so ng'abalala bawangula mu kikolwa kyabwe." }, { "english": "The three prisoners have been charged with murder.", "luganda": "Abasibe abasatu baavunaaniddwa ogw'obutemu." }, { "english": "Some prisoners refused to escape.", "luganda": "Abasibe abamu baagana okutoloka." }, { "english": "The prison force is still searching surrounding places to find the escapees.", "luganda": "Abakuumi b'ekkomera bakyanoonya mu bifo ebyetoolodde ekomera okuzuula abaatoloka." }, { "english": "The prison force has joined hands with the community to search for escaped prisoners.", "luganda": "Abakuumi b'ekkomera beegattidde wamu n'abantu okusobola okunoonya abasibe abaatoloka." }, { "english": "The prisoners took advantage of the police's negligence and escape.", "luganda": "Abasibe bakozesa omukisa gw'obulagajavu bwa poliisi n'ebatoloka mu komera." }, { "english": "How many coronavirus cases are confirmed in Uganda?", "luganda": "Tulina abalwadde b'akawuka ka kolona bameka mu Uganda?" }, { "english": "The director of human rights is suing the police for violation laws.", "luganda": "Omukulu w'ekitongole ekirwanirira eddembe ly'obuntu kivunaana poliisi olw'okutyoboola amateeka." }, { "english": "We journalists in the field covering the story.", "luganda": "Ffe bannamawulire abali mu kukwata eggulire." }, { "english": "Why violating human rights.", "luganda": "Lwaki otyoboola eddembe ly'obuntu?" }, { "english": "A journalist is advised to wear protective gears when covering stories.", "luganda": "Munnamawulire alabulwa okwesabika singa aba akwata ebigenda maaso." }, { "english": "Coronavirus is a pandemic.", "luganda": "Akawuka ka kolona kaabuna nsi yonna." }, { "english": "What are the duties of a journalist?", "luganda": "Munnamawulire akola mulimu ki?" }, { "english": "Why do you want a job in procurement?", "luganda": "Lwaki oyagala omulimu mu kugula ebintu?" }, { "english": "How much do you earn as a journalist?", "luganda": "Ofuna ssente mmeka nga munnamawulire?" }, { "english": "What are some of the measures put in place to control coronavirus?", "luganda": "Nteekateeka ki ezimu ku ziteekeddwawo okulwanyisa akawuka ka kolona?" }, { "english": "What does the news anchor do?", "luganda": "Omusasi w'amawulire akola ki?" }, { "english": "What are the necessities of life?", "luganda": "Byetaago ki eby'obulamu?" }, { "english": "Is coronavirus disease curable?", "luganda": "Obulwadde bw'akawuka ka kolona buwona?" }, { "english": "You have a good voice.", "luganda": "Olina eddoboozi eddungi." }, { "english": "How many people who have died of coronavirus?", "luganda": "Abantu bameka abafudde akawuka ka ssennyiga omukambwe?" }, { "english": "We have entry exams tomorrow.", "luganda": "Enkya tulina ebigezo by'okuyingira." }, { "english": "The hospital does not have emergency rooms.", "luganda": "Eddwaliro teririna busenge muteekebwa bayi." }, { "english": "He was fired from the police with immediate effect.", "luganda": "Yagobebwa amangu ddala okuva mu poliisi." }, { "english": "The ministry of health prohibits massive gatherings.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu egaana enkungaana ennene." }, { "english": "Coronavirus has killed more people this year than any other disease.", "luganda": "Akawuka ka ssennyiga omukambwe kasse abantu bangi okusinga endwadde endala omwaka guno." }, { "english": "Public transport is not allowed during the lockdown.", "luganda": "Entambula ey'olukale tekkirizibwa mu budde bwa muggalo." }, { "english": "What are chronic diseases?", "luganda": "Endwadde ez'olukonvuba ze zitya?" }, { "english": "The hospital has many coronavirus patients.", "luganda": "Eddwaliro lirina abalwadde b'akawuka ka ssennyiga omukambwe bangi." }, { "english": "What health facilities do you have?", "luganda": "Bya bujjanjabi ki bye mulina?" }, { "english": "What are the signs of high blood pressure?", "luganda": "Bwoleko ki kwolabira obulwadde bwa puleesa?" }, { "english": "What is the hospital visiting hours?", "luganda": "Ssaawa ki ez'okulambuliramu abalwadde mu ddwaliro?" }, { "english": "Wear a mask to prevent the spread of the coronavirus.", "luganda": "Yambala akakookolo oziyizze okusaasaana kw'akawuka ka kolona." }, { "english": "What treatment can be given to coronavirus patient?", "luganda": "Bujjanjabi ki obuyinza okuweebwa omulwadde w'akawuka ka ssenyigga omukambwe?" }, { "english": "How can I apply for the scholarship?", "luganda": "Nyinza ntya okwewandiisa okufuna sikaala?" }, { "english": "What is capital punishment?", "luganda": "Musango ki ogwannagomola ?" }, { "english": "Prevention is better than cure against coronavirus.", "luganda": "Okuziyiza kusinga okuwonya eri akawuka ka kolona." }, { "english": "What are your political ambitions?", "luganda": "Birubirirwa ki by'olina mu by'obufuzi?" }, { "english": "What is the recovery time for coronavirus?", "luganda": "Akawuka ka kolona kawonera mu bbanga ki?" }, { "english": "He tested positive with coronavirus.", "luganda": "Yasangiddwa n'akawuka ka kolona." }, { "english": "We have to quarantine coronavirus patients.", "luganda": "Tuyina okuteeka abalwadde b'akawuka ka kolona mu kkalantiini." }, { "english": "He was taken to hospital for treatment.", "luganda": "Yatwaliddwa mu ddwaliro afune obujjanjabi." }, { "english": "Are coronavirus patients responding well to the treatment?", "luganda": "Eddagala likola bulungi ku balwadde b'akawuka ka kolona?" }, { "english": "How many coronavirus deaths recorded as of today?", "luganda": "Abantu bameka abafudde akawuka ka kolona?" }, { "english": "The police are enforcing the laws.", "luganda": "Abapoliisi bakwasisa mateeka." }, { "english": "Public gathering increases the spread of coronavirus.", "luganda": "Enkungaana zo mu lujjudde zongera okusaasaanya akawuka ka ssennyiga omukambwe." }, { "english": "Journalists work in the media.", "luganda": "Bannamawulire bakola ku mikutu gy'amawulire." }, { "english": "We need to ensure the rule of law in this nation.", "luganda": "Twetaaga okukakasa nti amateeka gakola mu ggwanga lino." }, { "english": "Report any wrongdoing to the police.", "luganda": "Loopa buli ekimenya amateeka ku poliisi." }, { "english": "Who qualifies for a police bond?", "luganda": "Ani agwana okweyimirirwa ku kakalu ka Poliisi?" }, { "english": "What offences are heard in the supreme court", "luganda": "Misango ki egiwulirwa mu kkooti enkulu?" }, { "english": "You need to write a statement at the police station.", "luganda": "Weetaaga okuwandiika sitaatimenti ku sintenseni ya Poliisi." }, { "english": "I need a new cell phone.", "luganda": "Neetaaga essimu empya." }, { "english": "Who are the suspects in this case?", "luganda": "Baani abateeberezebwa mu musango guno?" }, { "english": "What are some of the presidential directives?", "luganda": "Biragiro ki ebimu ebya pulezidenti?" }, { "english": "Washing hands is mandatory in the fight against the coronavirus.", "luganda": "Okunaaba mu ngalo kya buwaze mu kulwanyisa akawuka ka kolona." }, { "english": "Many people have been infected with the coronavirus.", "luganda": "Abantu bangi basiigiddwa akawuka ka kolona." }, { "english": "Make youths buy street food.", "luganda": "Muleetere abavubuka okugula emmere yo ku nguudo." }, { "english": "What has led to the strike in your area?", "luganda": "Kiki ekiviiriddeko okwekalakaasa mu kitundu kyo?" }, { "english": "That letter is addressed to street vendors.", "luganda": "Ebbaluwa egenda eri abatembeeyi bo ku kkubo." }, { "english": "We are in the departmental meeting.", "luganda": "Biki ebiri mu nkiiko z'ebitongole?" }, { "english": "No street vendors are allowed to do their business on the roadside.", "luganda": "Tewali mutembeeyi akkirizibwa kukolera bizinensi ku mabbali g'ekkubo." }, { "english": "Write an apology letter to the manager.", "luganda": "Wandiika ebbaluwa y'okwetonda eri maneja." }, { "english": "Registered vendors are complaining about poor hygiene in the market.", "luganda": "Abatembeeyi abeewandiisa beemulugunya ku bukyafu obuli mu katale." }, { "english": "Is there space in the market for rent?", "luganda": "Waliwo ebifo mu katale eby'okupangisa?" }, { "english": "Street vendors sell their products on the sides.", "luganda": "Abatembeeyi b'oku nguudo batundira eby'amaguzi byabwe ku mabbali." }, { "english": "What is the gap between the poor and the rich?", "luganda": "Njawulo ki eri wakati w'abaavu n'abagagga?" }, { "english": "How can we increase our revenue?", "luganda": "Tuyinza tutya okwongeza ku musolo gwaffe?" }, { "english": "What is the name of that street?", "luganda": "Oluguudo olwo baluyita batya?" }, { "english": "Street vendors sell fake products.", "luganda": "Abatembeeyi bo ku kkubo batunda ebintu ebijingirire." }, { "english": "We have some misunderstandings are mongs us.", "luganda": "Tulinamu obutakwatagana wakati muffe." }, { "english": "I was denied a work permit.", "luganda": "Banyimye ebbaluwa enzikiriza okukola." }, { "english": "Vendors are to be relocated to a new place.", "luganda": "Abatunzi baakutwalibwa mu kifo ekipya." }, { "english": "Why are you getting involved in their business?", "luganda": "Lwaki wessa mu nsonga zaabwe?" }, { "english": "The lawyer is cross-examining the witness.", "luganda": "Puliida ali mukafubo n'omujulizi." }, { "english": "Businesses have been affected by the power outage.", "luganda": "Emirimu gikoseddwa olw'ebbula ly'amasannyalaze." }, { "english": "Who is the owner of that hotel?", "luganda": "Ani nnanyini woteeri eyo?" }, { "english": "Why are you disappointed?", "luganda": "Lwaki onakuwadde?" }, { "english": "You deserve better.", "luganda": "Oggwana ekisinga." }, { "english": "How do I verify my account?", "luganda": "Nkakasa ntya akawunta yange?" }, { "english": "What is the name of that Island?", "luganda": "Akazinga ako bakayita batya?" }, { "english": "He failed to deliver on time.", "luganda": "Yalemereddwa okubituusa mu budde." }, { "english": "I have a sneaking suspicion they will do well.", "luganda": "Nina okukiriza nti bajja kukola bulungi." }, { "english": "What are your biggest failures in life?", "luganda": "Binene ki ebikulemye mu bulamu?" }, { "english": "How does lack of electricity affect the economy?", "luganda": "Ebbula ly'amasannyalaze likosa litya enfuna y'eggwanga?" }, { "english": "We need to establish more industries in Uganda.", "luganda": "Tweetaga okutondawo amakolero amalala mu Uganda." }, { "english": "Who is the mayor of Kampala?", "luganda": "Ani meeya wa kampala?" }, { "english": "How much electricity does Uganda produce?", "luganda": "Uganda efulumya bungi ki obw'amasannyalaze?" }, { "english": "Who is the largest consumer of coffee in Uganda?", "luganda": "Ani asinga okugula emmwanyi mu Uganda?" }, { "english": "When was operation wealth creation program started?", "luganda": "Pulogulamu ya operation wealth creation yatandika ddi?" }, { "english": "What mobile network are you using?", "luganda": "Okozesa mukutu ki ogw'empuliziganya?" }, { "english": "When will the bidding take place?", "luganda": "Okusonda kunaabaawo ddi?" }, { "english": "What are ongoing promotions?", "luganda": "Pulomosoni ki ezigenda mu maaso?" }, { "english": "We don't have enough power supply at the hospital.", "luganda": "Tetulina masannyalaze gamala ku ddwaliro." }, { "english": "How much money was allocated to the task force?", "luganda": "Ssente mekka ezawebbwa akakiiko akakozi?" }, { "english": "Ministry of health is ensuring that standard operating procedures are followed.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu ekakasa nti ebiragiro ebitangira okusaasaana kw'akawuka ka kolona bigobererwa." }, { "english": "Do we have any confirmed case today?", "luganda": "Tuyinayo omulwadde yenna leero?" }, { "english": "Coronavirus is spreading rapidly.", "luganda": "Akawuka ka kolona kasaasaana mangu." }, { "english": "What is the estimated budget?", "luganda": "Embalirira eri etya?" }, { "english": "Washing hands is one way to prevent coronavirus.", "luganda": "Okunaaba mu ngalo ngeri emu z'okwewala akawuka ka kolona." }, { "english": "Human resource is interviewing the candidate now.", "luganda": "Akwasaganya abakozi ali mu kubuuza ayagala omulimu." }, { "english": "Surveillance cameras have been put in place.", "luganda": "Kkamera enkessi ziteekeddwawo." }, { "english": "We have a report on how we can prevent coronavirus.", "luganda": "Tulina alipoota ku ngeri gy'etuyinza okuziyizamu akawuka ka kolona." }, { "english": "Malaria kills more people than other diseases.", "luganda": "Omusujja gwe'nsiri gutta abantu bangi okusinga endwadde endala." }, { "english": "Many people are infected with the disease.", "luganda": "Abantu bangi baakwatibwa obulwadde." }, { "english": "The immigration laws need to be reviewed.", "luganda": "Amateeka ku bayingira mu ggwanga getaaga okwetegereza." }, { "english": "No movements are allowed during the curfew time.", "luganda": "Teri kutambula kukkirizibwa mu budde bwa kaafiyu." }, { "english": "How can we fight coronavirus?", "luganda": "Tusobola tutya okulwanyisa akawuka ka kolona?" }, { "english": "What is your cultural background?", "luganda": "Oli wa ggwanga ki?" }, { "english": "What foods don't you eat?", "luganda": "Mmere ki gy'otalya?" }, { "english": "How is coronavirus spread from one person to another?", "luganda": "Akawuka ka kolona kasaasaana katya okuva ku muntu omu okudda ku mulala?" }, { "english": "What are the signs of malaria?", "luganda": "Bubonero ki obulaga omusujja gw'ensiri?" }, { "english": "We need to do tests in the laboratory.", "luganda": "Twetaaga okukeberera mu laabu." }, { "english": "We only have one laboratory in the hospital.", "luganda": "Tulina laabu emu yokka mu ddwaliro." }, { "english": "Your test results are still in the laboratory.", "luganda": "Ebivudde mu kukebera bikyali mu laabu." }, { "english": "The doctor said they are still investigating the cause of the disease.", "luganda": "Omusawo yagambye bakyanoonyereza ekyaleese obulwadde." }, { "english": "How to prevent kidney failure", "luganda": "Engeri ki ey'okuziiyiza okulemererwa kw'ensigo." }, { "english": "How much money do you pay for health services?", "luganda": "Osasula ssente mmeka mu kujjanjabibwa?" }, { "english": "We need more equipment in the laboratory.", "luganda": "Twetaaga ebikozesebwa ebirala mu laabu." }, { "english": "What is costing in the accounting", "luganda": "Ebbeeyi kye ki mu kubalirira?" }, { "english": "Minister of Health is inspecting hospitals.", "luganda": "Minisita w'ebyobulamu alambula amalwaliro." }, { "english": "How can patients complaints be reduced?", "luganda": "Okwemulugunya kw'abalwadde kusobola kutya okukendeezebwa?" }, { "english": "We need to work together as a team.", "luganda": "Twetaaga okukolera awamu nga ttiimu." }, { "english": "Do you have any evidence against him?", "luganda": "Olinayo obujulizi bwonna obumulumiriza?" }, { "english": "Do not trust people.", "luganda": "Teweesiga bantu." }, { "english": "Take those chemicals to the laboratory.", "luganda": "Twala eddagala eryo mu kkeberero." }, { "english": "What is your complaint?", "luganda": "Weemulugunnya ku ki?" }, { "english": "Should the coronavirus patients be isolated in hospitals?", "luganda": "Abalwadde b'akawuka ka kolona bateekeddwa okwawulibwa mu ddwaliro?" }, { "english": "How do you spell apologetics?", "luganda": "Onyukutawaza otya \"apologetics\"?" }, { "english": "She confessed her sins to the priest.", "luganda": "Yayatudde ebibi bye eri kabona." }, { "english": "Sorry for the loss of your loved one.", "luganda": "Nga olabye okufiirwa omwagalwa wo." }, { "english": "How to conduct an internal investigation?", "luganda": "Engeri y'okukolamu okunoonyereza okwomunda." }, { "english": "He promised never to leave me.", "luganda": "Yansuubiza obutandekawo." }, { "english": "What are some of your fears?", "luganda": "Okutya kwo okumu kuliwa?" }, { "english": "I worked for ten years without resting.", "luganda": "Nakolera emyaka kkumi nga siwummula." }, { "english": "Why are you scared?", "luganda": "Lwaki otidde?" }, { "english": "How long should oneself quarantine?", "luganda": "Omuntu alina okweyawulira bbanga ki?" }, { "english": "When is the news update?", "luganda": "Ebipya mu mawulire bya ddi?" }, { "english": "You need to be hopeful.", "luganda": "Weetaaga okubeera n'essuubi." }, { "english": "Which car are you going with?", "luganda": "Mmotoka ki gy'ogenda nayo?" }, { "english": "What time have you set your alarm?", "luganda": "Akade ko okateze kuvuga ssaawa mmeka?" }, { "english": "What is the nature of your work?", "luganda": "Okola mulimu ki?" }, { "english": "Is the patient showing any signs of coronavirus.", "luganda": "Omulwadde alaga obubonero bw'akawuka ka kolona bwonna?" }, { "english": "What is the normal body temperature?", "luganda": "Omubiri omulamu gulina kuba na bbugumu lye nkanaki?" }, { "english": "Which room have you booked?", "luganda": "Wekutte kasenge ki?" }, { "english": "Where are you coming from?", "luganda": "Ova wa?" }, { "english": "What are some of the signs of coronavirus?", "luganda": "Obumu ku bubonero bw'akawuka ka kolona bwe buli wa?" }, { "english": "Older people may be severely affected by virus.", "luganda": "Abakadde bandikosebwa akawuka eby'ensuso ." }, { "english": "Uganda has reported its first case of coronavirus.", "luganda": "Uganda efunyeyo omulwadde w'akawuka ka kolona asoose." }, { "english": "Report any coronavirus suspects to the nearest health centre.", "luganda": "Loopa omuntu yenna ateberezebwa okuba n'akawuka ka kolona ku ddwaliro eri kuli okumpi." }, { "english": "We can pump water from the River Nile.", "luganda": "Tusobola okusunda amazzi okuva mu mugga kiyiira." }, { "english": "Which dam is on River Nile?", "luganda": "Kiyiriro ki ekiri ku mugga kiyira?" }, { "english": "Do you have any food supplements?", "luganda": "Olinayo ebiriisa byonna?" }, { "english": "Falls on River Nile attract tourists in Uganda.", "luganda": "Ebiyiriro ku mugga kiyira bisikiriza abalambuzi mu Uganda." }, { "english": "Which rivers are flowing towards river Nile?", "luganda": "Migga ki egikulukuta nga gizza eri omugga kiyira?" }, { "english": "That car is so expensive.", "luganda": "Eno emottoka ya beeyi nnyo." }, { "english": "Have you carried out the feasibility study?", "luganda": "Okoze okunoonyereza ku kintu ekisoboka?" }, { "english": "Stop encroaching on the wetland.", "luganda": "Mukomye okwesenza mu ntobazi." }, { "english": "How are monitoring and evaluation done?", "luganda": "Okulondoola n'okwekaliriza bikolebwa bitya?" }, { "english": "Girls have monthly periods.", "luganda": "Abawala bagenda mu nsonga buli mwezi." }, { "english": "The budget is read every financial year.", "luganda": "Embalirira esomebwa buli mwaka gw'ebyensimbi." }, { "english": "Local defence unity has restored peace in your region.", "luganda": "Abukuuma byalo bakomezzaawo eddembe mu kitundu kyo." }, { "english": "Everyone needs water for drinking cooking washing and bathing.", "luganda": "Buli omu yeetaaga amazzi ag'okunywa okufumba okwoza n'okunaaba." }, { "english": "How many litres of water are in that tank?", "luganda": "Mu tanka mulimu liita z'amazzi mmeka?" }, { "english": "We have to fight against corruption in Uganda.", "luganda": "Tulina okulwanyisa obuli bw'enguzi mu Uganda." }, { "english": "Which media company are you working for?", "luganda": "Okolera mukutu ki ogw'ebyempuliziganya?" }, { "english": "The electoral commission is preparing election next year.", "luganda": "Akakiiko k'ebyokulonda kateekateeka kulonda omwaka ogujja." }, { "english": "Which commodities are priced in dollars?", "luganda": "Byamaguzi ki ebitundibwa mu nsimbi ya doola?" }, { "english": "What is corruption?", "luganda": "Obuli bw'enguzi kye ki?" }, { "english": "What is considered bribery?", "luganda": "Kiki ekitwalibwa okuba obuli bw'enguzi?" }, { "english": "We have the right to access information.", "luganda": "Tulina obuweebwa okufuna amawulire." }, { "english": "You shouldn't be disappointed by the court ruling.", "luganda": "Totekeddwa kunyiiga lwa kusalawo kwa kooti." }, { "english": "Which prison was he taken too?", "luganda": "Bamutwala mu kkomera ki?" }, { "english": "We have a press conference today.", "luganda": "Tulina olukungana lwa bannamawulire olwaleero." }, { "english": "Journalists are not allowed to record court hearings.", "luganda": "Banamawulire tebakkirizibwa kukwata bigenda maaso mu kooti." }, { "english": "What does the law say about ignorance?", "luganda": "Etteeka lyogera ki ku butamanya?" }, { "english": "All those seeking justice should go to court.", "luganda": "Abo bonna abagala obw'enkanya balina kugenda mu kkooti." }, { "english": "Don't be intimidated by what you don't know.", "luganda": "Totiisibwatiisibwa n'ebyo byotamanyi." }, { "english": "We can only get justice in the courts of law.", "luganda": "Tusobola okufuna obw'enkanya mu mbuga za kkooti wokka." }, { "english": "Which book are you reading next?", "luganda": "Kitabo ki ky'oddako okusoma?" }, { "english": "Power belongs to the people.", "luganda": "Obuyinza buli mu bantu." }, { "english": "I am a citizen of Uganda.", "luganda": "Ndi munnsansi wa Uganda." }, { "english": "The rescue team is on its way.", "luganda": "Ttiimu enziruukirize eri mu kkubo." }, { "english": "Whose land is this?", "luganda": "Ettaka lino ly'ani?" }, { "english": "What causes land grabbing?", "luganda": "Kiki ekivaako ekibba ttaka?" }, { "english": "You need to take care of your children.", "luganda": "Olina okulabirira abaana bo." }, { "english": "How many families were displaced?", "luganda": "Famire mmeka ezaasenguddwa?" }, { "english": "They will die of hunger if no one comes to their rescue.", "luganda": "Bajja kufa enjala singa tewabaawo avaayo kubayamba." }, { "english": "Why is revenge bad?", "luganda": "Lwaki okuwoolera kibi?" }, { "english": "You need to come back home.", "luganda": "Weetaaga okukomawo ewaka." }, { "english": "We need to beef up the security in the village.", "luganda": "Twetaaga okunyweza ebyokwerinda mu kyalo." }, { "english": "Family is the foundation of the community.", "luganda": "Amaka gwe musingi gw'ekitundu." }, { "english": "He was remanded ten years in prison.", "luganda": "Yasaliddwa emyaka kkumi mu kkomera." }, { "english": "Which animals are on your farm?", "luganda": "Bisolo ki ebiri ku ffaamu yo?" }, { "english": "What's the size of your farmland?", "luganda": "Ettaka lya faamu yo ya bugazi ki?" }, { "english": "The police have managed to arrest the leader of the rebel group.", "luganda": "Poliisi esobodde okukwata omukulembeze w'ekibinja ky'abayeekera'" }, { "english": "We should promote peace and harmony in the community.", "luganda": "Tulina okutumbula eddembe n'obumu mu kitundu." }, { "english": "I am staying with my family.", "luganda": "Mbeera ne famire yange." }, { "english": "A new political party has been launched.", "luganda": "Ekibiina ky'ebyobufuzi ekipya kitongozeddwa." }, { "english": "How can I be transformed by the renewing of my mind?", "luganda": "Nsobola kukyusibwa ntya nga nziza obuggya mu ndowooza yange?" }, { "english": "Who is an entrepreneur?", "luganda": "Omutandisi wa bizinensi y'ani?" }, { "english": "How much is the registration fee?", "luganda": "Okwewandiisa kwa ssente mmeka?" }, { "english": "Stop wasting time explaining yourself to others.", "luganda": "Lekera awo okumala ebiseera nga wennyonnyolako mu abalala." }, { "english": "The professor criticized his academic paper.", "luganda": "Kakensa yakolokose empapula ze ez'obuyigirize." }, { "english": "The success of a project should be measured by its results.", "luganda": "Obuwanguzi bwa pulojekiti bulina kupimirwa ku bigivaamu." }, { "english": "Many government projects fail as a result of poor management.", "luganda": "Pulojekiti za gavumenti nnyingi zifa olw'okuziddukanya obubi." }, { "english": "He provided a set of rules and regulations for accounting.", "luganda": "Yawaddeyo omuteeko gw'amateeka n'ebiragiro okubalirirwa." }, { "english": "Farmers' groups will be exempted from paying taxes.", "luganda": "Ebibiina by'abalimi bijja kusonyiyibwa emisolo." }, { "english": "He will be able to make smart decisions with his money.", "luganda": "Ajja kusobola okukola okusalawo okulungi ne ssente ze." }, { "english": "He was arrested for swindling group funds.", "luganda": "Yakwatiddwa olw'okubulankanya ssente z'ekibiina?" }, { "english": "It requires teamwork for effective coordination.", "luganda": "Kyetaagisa okukolera awamu okukwatagana obulungi." }, { "english": "Each district will be notified how much money it will be receiving.", "luganda": "Buli disitulikiti ejja kutegeezebwa ssente mmeka z'ejja okufuna." }, { "english": "These institutions have adopted ways to prevent the spread of viral diseases.", "luganda": "Ebitongole bizze ku ngeri z'okutangiramu okusaasaana kw'endwadde z'obuwuka." }, { "english": "Discrimination affects the well being and mental health of people.", "luganda": "Okusobola kukosa obulamu n'embeera y'obwongo y'abantu." }, { "english": "Government is aiming at improving health care for the public.", "luganda": "Gavumenti eruubirira okutumbula ebyobulamu by'abantu." }, { "english": "The three days meeting ended yesterday on the seventh of November.", "luganda": "Olukiiko olw'ennaku essatu lwawedde eggulo nga musanvu Museenene." }, { "english": "It is to close the gap of new infections to women and girls.", "luganda": "Kya kuziba omuwaatwa gw'okufuna obulwadde obupya mu abakazi n'abawala." }, { "english": "People with this viral disease live longer nowadays.", "luganda": "Abantu abalina obuwadde bw'akawuka buno ennaku zino bawangaala." }, { "english": "It's always good to socialize with people suffering from this disease.", "luganda": "Bulijjo kirungi okukolagana n'abantu abalina obulwadde buno." }, { "english": "Sex work is high among the youth in the slums of Kampala.", "luganda": "Obwamalaaya bungi mu bavubuka mu nzigotta za Kampala." }, { "english": "The number of people living with the disease has increased and don't access treatment.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu abalina obulwadde gweyongedde ate tebasobola kufuna bujjanjabi." }, { "english": "This viral infection can be eliminated.", "luganda": "Obulwadde bw'akawuka buno busobola okwewalibwa." }, { "english": "Some health workers don't have care for their patients.", "luganda": "Abasawo abamu tebafa ku balwadde baabwe." }, { "english": "Health workers are empowered to provide health services appropriate to all people.", "luganda": "Abasawo bakubirizibwa okuwa obujjanjabi obutuukira ku bantu bonna." }, { "english": "Various organizations have come up to help to stop the spread of this disease.", "luganda": "Ebitongole eby'enjawulo bivuddeyo okuyambako okukomya okusaasaana kw'obulwadde buno." }, { "english": "The organization is providing free treatment and care of people with this viral disease.", "luganda": "Ekitongole kiwa obujjanjabi obw'obwereere eri abantu abalina ekirwadde kino ekiyita mu mpewo." }, { "english": "They are mobilizing the community with testing and counselling.", "luganda": "Bakunga abantu okugenda okwekebeza n'okubudaabudibwa.." }, { "english": "Traditional birth attendants were banned in Uganda but they continue to practice.", "luganda": "Bamulerwa baawerebwa mu Uganda naye bakyakola." }, { "english": "The president did not attend the ceremony.", "luganda": "Pulezidenti teyabadde ku mukolo." }, { "english": "The vice president represented the president at the ceremony.", "luganda": "Omumyuka wa pulezidenti yakiikiridde pulezidenti ku mukolo." }, { "english": "The minister donated two ambulances to the district.", "luganda": "Minisita yawadde disitulikiti emmotoka bbiri ezitambuza abalwadde." }, { "english": "People were disappointed when the guest of honour didn't turn up.", "luganda": "Abantu baggwamu amaanyi omugenyi omukulu bw'atajja." }, { "english": "His individual presence would mean a lot to the community.", "luganda": "Okubeerawo kwe mu buntu kwanditegeezezza kinene nnyo eri ekitundu" }, { "english": "They needed financial support to run the project.", "luganda": "Beetaaga obuyambi mu by'ensimbi okuddukanya pulojekiti." }, { "english": "They expected a special token from the guest of honour.", "luganda": "Baasuubiddeyo ssente ez'enjawulo okuva mu omugenyi omukulu." }, { "english": "They will meet to discuss the construction of the new stadium.", "luganda": "Bajja kusisinkana okukubaganya ebirowoozo ku kuzimba ekisaawe ekipya." }, { "english": "She won her first individual title by winning the junior race last year.", "luganda": "Yawangula ekikopo kye kyasooka nga awangula emisinde gy'abato omwaka oguwedde." }, { "english": "The president promised to contribute to the project personally.", "luganda": "Pulezidenti yasuubizza okuwaayo eri pulojekiti ng'omuntu." }, { "english": "His absence tarnished his image in the community.", "luganda": "Okubulawo kwe kwayonoona ekifaananyi kye mu kitundu." }, { "english": "He is expected to visit them at any time.", "luganda": "Asuubirwa okubakyalira obudde bwonna." }, { "english": "Load shedding will increase due to the decrease in water levels of Lake Victoria.", "luganda": "Okuvaako kw'amasannyalaze kujja kweyongera olw'okukendeera kw'amazzi mu nnyanja Nalubaale." }, { "english": "The low levels of water have greatly affected the power generation.", "luganda": "Obutono bw'amazzi bukosezza nnyo enkola y'amasannyalaze." }, { "english": "The power plant was established to develop industrialization in that area.", "luganda": "Ekkolero ly'amasannyalaze lyazimbibwa okukulaakulanya amakolero mu kitundu ekyo." }, { "english": "The loading shedding will take a period of two weeks.", "luganda": "Amasannyalaze gajja kubula okumala wiiki bbiri." }, { "english": "Dams will be built to raise the water levels and create a lake for storing water.", "luganda": "Amabibiro gajja kuzimbibwa okwongera ku bungi bw'amazzi n'okutondawo ennyanja y'okutereka amazzi." }, { "english": "They have suffered financial loss because of loading shedding.", "luganda": "Bafiiriziddwa mu byenfuna olw'ebbula ly'amasannyalaze." }, { "english": "The district leaders are looking for a solution to load shedding.", "luganda": "Abakulembeze ku disitulikiti banoonya eky'okukolera ebbula ly'amasannyalaze." }, { "english": "There is a meeting tomorrow to lay strategies of restoring electricity in their area.", "luganda": "Waliyo olukiiko enkya olw'okutema empenda z'okuzza amasannyalaze mu kitundu." }, { "english": "Some leaders don't do what they are assigned to do.", "luganda": "Abakulembeze abamu tebakola kyabaweebwa kukola." }, { "english": "The district leaders wrote a letter to the power company expressing their dissatisfaction.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti baawandiikidde ekitongole ky'amasannyalaze ebbaluwa nga balaga obutali bumativu bwabwe." }, { "english": "They cannot tolerate the load shedding any more.", "luganda": "Tebakyasobola kugumiikiriza bbula lya masannyalaze wadde n'akatono." }, { "english": "We are not getting any response from the power suppliers.", "luganda": "Tetufuna kuddibwamu kwonna okuva nu babunyisa amasannyalaze." }, { "english": "The minister donated three ambulances to the district.", "luganda": "Minisita yawadde disitulikiti emmotoka ezitambuza abalwadde ssatu." }, { "english": "The district leaders received the ambulance with joy.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti baayanirizza emmotoka etambuza abalwadde mu ssanyu." }, { "english": "It is costly to access the health facilities in our area.", "luganda": "Kya buseere okufuna obujjanjabi mu kitundu kyaffe." }, { "english": "The community highly appreciated her for the donation.", "luganda": "Abantu baasiima nnyo kye yawaayo." }, { "english": "In the case of referral the patient is to cater to the fuel cost.", "luganda": "Singa omulwadde abeera asindikibwa mu ddwaliro eddene ateekeddwa okusasula ebisale by'amafuta." }, { "english": "It is good for a mother to plan for her pregnancy.", "luganda": "Kirungi maama okuteekerateekera olubuto lwe." }, { "english": "The district leader thanked her for having a kind and giving heart.", "luganda": "Omukulembeze wa disitulikiti yamwebazizza olw'omutima gwe ogw'ekisa era omugabi." }, { "english": "She gave back to the community as a token of appreciation for voting her.", "luganda": "Yaddiza abantu nga akasiimo kw'okwebaza okumulonda." }, { "english": "Leaders should go back on the ground and know the challenges their people are facing.", "luganda": "Abakulembeze balina okuddayo mu bantu okutegeera okusoomoozebwa abantu baabwe kwe basanga." }, { "english": "Every day many women and girls die from preventable causes of pregnancy and childbirth.", "luganda": "Buli lunaku abakazi n'abawala bafa olw'embeera y'embuto eyinza okwewalibwa ne mu kuzaala." }, { "english": "We appreciate you for the strong woman you are.", "luganda": "Tukusiima olw'okubeera omukyala omugumu." }, { "english": "Trust is something that two people in a relationship can build together.", "luganda": "Obwesigwa ky'ekintu abantu ababiri mu mukwano kye basobola okuzimbira awamu." }, { "english": "Some leaders forget about the people who voted them to be where they are.", "luganda": "Abakulembeze abamu beerabira abantu abaabalonda okubeera we bali." }, { "english": "He renovated all the roads in his constituency.", "luganda": "Yalongoosa enguudo zonna mu kitundu kye ky'akiikirira." }, { "english": "Because of her kind heart she felt her people needed the ambulance.", "luganda": "Olw'omutima gwe ogw'ekisa yawulidde nti abantu be beetaaga emmotoka etambuza abalwadde." }, { "english": "He revealed that ambulances are among the items exempted from taxes.", "luganda": "Yannyonnyodde nti emmotoka etambuza abalwadde eri mu bintu ebitaggyibwako misolo." }, { "english": "Selling off one vehicle was the only alternative she had.", "luganda": "Okutundako emmotoka emu kye kintu kyokka kye yabadde nakyo." }, { "english": "Electrification helps to reduce poverty.", "luganda": "Okubunyisa amasannyalaze kiyamba okukendeeza obwavu." }, { "english": "As a woman I know the suffering mothers go through while giving birth.", "luganda": "Ng'omukazi mmanyi okubonaabona bamaama kwe bayitamu nga bazaala." }, { "english": "Many pregnant mothers have to walk for long distances to access health facility.", "luganda": "Bamaama b'embuto bangi balina okutambuza engendo empanvu okufuna obujjanjabi." }, { "english": "The ambulances were distributed to different hospitals in the district.", "luganda": "Emmotoka ezitambuza abalwadde zaaweereddwa malwaliro ag'enjawulo mu disitulikiti." }, { "english": "The celebration will take place at the district headquarters.", "luganda": "Ekikujjuko kijja kubeera ku kitebe kya disitulikiti ekikulu." }, { "english": "This day will be celebrated annually.", "luganda": "Olunaku luno lujja kukuzibwanga buli mwaka." }, { "english": "Many weddings have been rescheduled or even cancelled due to the pandemic.", "luganda": "Embaga nnyingi zikyusiddwa oba n'okusazibwamu olw'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "Through engineering many people are employed.", "luganda": "Okuyita mu bwa yinginiya abantu bangi balina emirimu." }, { "english": "When natural habitats are destroyed the environment is degraded.", "luganda": "Ebitonde bwe bittibwa obutonde buba bwonooneddwa." }, { "english": "Climate change and water scarcity is also another problem faced by engineers.", "luganda": "Enkyukakyuka y'embeera y'obudde n'ebbula ly'amazzi nabwo buzibu obulala bayinginiya bwe basanga." }, { "english": "Technology opens up doors of new opportunities to do business.", "luganda": "Tekinologiya aggulawo enzigi z'emikisa empya okukola bizinensi." }, { "english": "Religious leaders are working hand in hand in the development of our village.", "luganda": "Abakulembeze b'nzikiriza bakolera wamu okukulaakulanya ekyalo kyaffe." }, { "english": "I want to know what it takes to be an engineer?", "luganda": "Njagala okumanya ki ekyetaagisa okufuuka yinginiya?" }, { "english": "Social gathering has been restricted to stop the spread of coronavirus.", "luganda": "Enkungaana z'abantu ziteekeddwako obukwakkulizo okukomya okusaasaana kw'akawuka ka kolona." }, { "english": "In cases where public safety is concerned it requires an engineer to be licensed.", "luganda": "Bwe kituuka nga obulamu bw'abantu bulina okufiibwako kyetaagisa yinginiya alina layisinsi." }, { "english": "She sued the contractor over the badly made roof on her house.", "luganda": "Yawaabidde eyaweebwa ttenda olw'akasolya k'enju ye akabi akaakolebwa." }, { "english": "The leaders have organised a training for all the engineers in the community.", "luganda": "Abakulembeze ategese okutendekebwa kwa bayinginiya bonna mu kitundu." }, { "english": "Every engineer is responsible for any careless work done.", "luganda": "Buli yinginiya avunaanyizibwa ku mulimu gw'obulagajjavu ogukolebwa." }, { "english": "The community stands to gain a lot by exposing young girls to engineering.", "luganda": "Ekitundu kijja kufunamu nnyo nga kiyigiriza abawala abato obwa yinginiya." }, { "english": "Teachers should teach students how to embrace engineering and not fear it.", "luganda": "Abasomesa balina okusomesa abayizi okwagala obwa yinginiya baleme kubutya." }, { "english": "Street lights make people feel safe at night.", "luganda": "Ebitaala by'oku nguudo bireetera abantu okuwulira nga batebenkevu ekiro." }, { "english": "That jungle is a home for criminals and drug dealers.", "luganda": "Ekibira ge maka g'abamenyi b'amateeka n'abakozesa ebiragalalagala." }, { "english": "It makes the streets feel safer and more secure especially for women.", "luganda": "Kifuula oluguudo okubeera olutebenkevu era olutaliiko bulabe naddala eri abakyala." }, { "english": "Street lights allow traders to operate for longer hours.", "luganda": "Amataala g'oku nguudo gakkiriza abasuubuzu okukolera essawa empavuko." }, { "english": "Smoke from the local lamps affects human health.", "luganda": "Omukka okuva mu munakutadooba gukosa obulamu bw'abantu." }, { "english": "Thieves are likely to choose a place that looks like there is no security.", "luganda": "Ababbi batera okulonda ekifo ekirabika nga temuli bukuumi." }, { "english": "When the criminals are arrested they bribe the police to release them.", "luganda": "Abazzi b'emisango bwe bakwatibwa bagulirira poliise ebate." }, { "english": "The district doesn't have money for the maintenance of the security lights.", "luganda": "Disitulikiti terina ssente za kuddaabiriza bitaala bya kunguudo." }, { "english": "Bulbs with shorter lifespan need to be often replaced.", "luganda": "Amatala agatawangala geetaaga okukyusibwanga buli kadde." }, { "english": "Five men have been arrested over theft of street lights.", "luganda": "Abasajja batano bakwattiddwa ku by'okubba amataala g'oku nguudo." }, { "english": "He advised that it's less costly to use solar street lights.", "luganda": "Yatuwa amagezi nti si kya buseere okukozesa amataala g'amaanyi g'enjuba." }, { "english": "The district put in funds for the installation of lights but they were not purchased.", "luganda": "Disitulikiti yawaayo ssente okuteekayo amataala naye tegaagulibwa." }, { "english": "Very soon the lights will begin to function.", "luganda": "Mu bwangu ebitala bijja kutandiika okukola." }, { "english": "Solar lights were installed but the batteries were stolen at night.", "luganda": "Ebitala by'amannyi g'enjuba by'ateereddwayo naye amanda gabbiddwa ekiro." }, { "english": "We are patiently waiting for the installation of the street lights.", "luganda": "Tulindiridde n'obugumiikiriza okuteekayo ebitala by'oku nguudo." }, { "english": "Our town has the best roads in the whole town.", "luganda": "Akabuga kyaffe kye kisinga enguddo enungi mu kibuga kyonna." }, { "english": "Women are free to participate in the politics of the country.", "luganda": "Abakyala ba ddembe okwenyigira mu byobufuzi by'eggwanga." }, { "english": "The committee is calling upon members to clear their contribution in time.", "luganda": "Akakiiko kayita bannakibiina okumalayo obuyambi bwabwe mu budde." }, { "english": "The women leaders in the district already fulfilled their pledges.", "luganda": "Abakulembeze b'abakyala mu disitulikiti baamaze kutuukiriza obweyamo bwabwe." }, { "english": "The district traders' association has provided all the chairs required for the function.", "luganda": "Ekibiina ky'abasuubuzi mu disitulikiti bawaddeyo entebe zonna ezeetaagisa ku mukolo." }, { "english": "Today's function has attracted more guests compared to the one of last year.", "luganda": "Omukolo gwa leero guleese abantu bangi okusinga ku gw'omwaka oguwedde." }, { "english": "Women have been trained in many income-generating activities throughout the year.", "luganda": "Abakyala batendekeddwa emirimu mingi egivaamu ssente okuyita mu mwaka gwonna." }, { "english": "Some of the big shops in the city are owned by women.", "luganda": "Agamu ku madduka agasinga obuneene mu kibuga ga bakyala." }, { "english": "The image of women has improved compared to the past.", "luganda": "Ekifaananyi ky'abakyala kirongoose bw'ogeraageranya ku dda." }, { "english": "Women have financially supported their husbands in developing their families.", "luganda": "Abakyala bayambyeko abaami baawe mu byenfuna okukulaakulanya amaka gaabwe." }, { "english": "Women's day is celebrated every year in March across the country.", "luganda": "Olunaku lw'abakyala lukuzibwa buli mwaka mu mwezi gwa Mugulansigo okwetooloola eggwanga." }, { "english": "The committee has organized for women with disabilities.", "luganda": "Akakiiko kateekeddeteekedde abakyala abaliko obulemu." }, { "english": "Women planted over one tree in last year's celebrations.", "luganda": "Abakyala baasimba omuti ogusukka ogumu mu kujaguza kw'omwaka oguwedde." }, { "english": "Beekeeping is a profitable business in Uganda.", "luganda": "Okulunda enjuki bizinensi erimu ssente mu Uganda." }, { "english": "Educational seminars help learners to pass well.", "luganda": "Semina z'okusoma ziyamba abayizi okuyita obulungi." }, { "english": "Government schools in our area performed well last year.", "luganda": "Amasomero ga gavumenti mu kitundu kyaffe gakola bulungi omwaka oguwedde." }, { "english": "Mathematics was poorly done in the whole district.", "luganda": "Essomo ery'okubala lyakolebwa bubi mu disiulikiti yonna." }, { "english": "The educational officer thanked teachers for the good work done.", "luganda": "Akulira ebenjigirza yeebazizza abasomesa olw'omulimu omulungi gwe bakoze." }, { "english": "Some schools were so disappointed with bad results.", "luganda": "Amasomero agamu gaggwamu nnyo amaanyi olw'okukola obubi." }, { "english": "No single candidate scored four in our village this year.", "luganda": "Tewali muyizi n'omu yafunye nnya mu kyalo kyaffe omwaka guno." }, { "english": "Girls have performed better than boys this year.", "luganda": "Abawala bakoze okusinga abalenzi omwaka guno." }, { "english": "The best school in the district got forty-four aggregates.", "luganda": "Essomero eryasinze mu disiulikiti lyafunye obubonero ana mu buna." }, { "english": "The educational officer has advised teachers to set weekly tests for better results.", "luganda": "Akulira ebyenjigiriza awadde abasomesa amagezi okuteeketeeka ebigezo by'okwegezaamu buli wiiki olw'obubonero obulungi." }, { "english": "Some headteachers have been demoted due to poor performance.", "luganda": "Abakulu b'amasomero abamu bassiddwa eddaala olw'okukola obubi." }, { "english": "When he gets good grades the headteacher is highly praised for his efforts.", "luganda": "Bw'afuna obubonero obulungi omukulu w'essomero yeebazibwa nnyo olw'amaanyi ge." }, { "english": "Research shows that children learn very fast when taught in their mother language.", "luganda": "Okunoonyereza kulaga nti abaana bakwata mangu nga basomeseddwa mu lulimi lwabwe oluzaaliranwa." }, { "english": "Teachers in village schools are fond of dodging work without genuine reasons.", "luganda": "Abasomesa mu masomero g'omu byalo bateera nnyo okuyosa ku mullimu nga tewali nsonga za ssimba." }, { "english": "Poor payment of fees by parents badly affects learners' results.", "luganda": "Abazadde okusasula obubi ebisale by'essomero kikosa ensoma y'abayizi." }, { "english": "The school with the best performance last year declined this year.", "luganda": "Essomero erasinga okukola obulungi omwaka oguwedde liseebengeredde omwaka guno." }, { "english": "The school has maintained its position in the district for five years.", "luganda": "Essomero likuumye ekifo kyalyo mu disitulikiti okumala emyaka etaano." }, { "english": "Because of the poor performance parents are forced to change their children schools.", "luganda": "Olw'okukola obubi abazadde bakakibwa okukyusa amasomero g'abaana baabwe." }, { "english": "Lack of enough qualified teachers in the district leads to poor performance.", "luganda": "Ebbula ly'abasomesa abatendeke abamala mu disitulikiti kireetera okukola obubi." }, { "english": "Church founded schools have a feeding plan for their children.", "luganda": "Amasomero agali ku musingi gw'ekkanisa galina enteekateka y'okuliisa abaana baago." }, { "english": "Three of the cabinet ministers come from our district.", "luganda": "Basatu ku baminisita ba kaabineeti bava mu disitulikiti yaffe." }, { "english": "One of the topmost former leaders of this country came from our village.", "luganda": "Omu ku bakulembeze b'oku ntiko b'omu ggwanga lino ava ku kyalo kyaffe." }, { "english": "Majority of farmers grow crops for sale.", "luganda": "Abalimi abasinga balima ebirime nga bya kutunda." }, { "english": "One of the main leisure activities for men in Uganda is drinking alcohol.", "luganda": "Ogumu ku mirimu gy'abasajja okwewummuzaako mu Uganda kwe kunywa omwenge." }, { "english": "School children who eat porridge during lunchtime doze during afternoon lessons.", "luganda": "Abaana b'essomero abalya obuugi mu budde bw'ekyemisana basumagirira mu masomo g'akawungeezi." }, { "english": "Many learners' miss exams due to parents' failure to pay school fees.", "luganda": "Abayizi bangi basubwa ebigezo olw'abazadde okulemererwa okusasula ebisale by'essomero." }, { "english": "Children with bad peer groups have higher chances of failing academically.", "luganda": "Abaana abalina emikwano emibi balina emikisa mingi okulemererwa mu kusoma." }, { "english": "Parents should ensure that children do their homework every day.", "luganda": "Abazadde balina okukakasa nti abaana bakola emirimu egibaweebwa okukolera awaka buli lunaku." }, { "english": "Proper upbringing of a child yields good results.", "luganda": "Okukuza omwana obulungi kivaamu ebirungi." }, { "english": "Some students were caught and punished for entering a disco hall.", "luganda": "Abayizi abamu baakwatiddwa ne babonerezebwa olw'okuyingira mu kiduula." }, { "english": "Some entertainment centres have been closed down for allowing young girls in.", "luganda": "Ebifo ebisanyukkirwamu ebimu biggaddwa olw'okukkiriza abawala abato okubibeeramu." }, { "english": "Girls in rural areas engage in sexual acts at an early age.", "luganda": "Abawala mu byalo beetaba mu bikolwa by'okwegatta ku myaka emito." }, { "english": "Schools keep learners busy with homework throughout the weekend.", "luganda": "Amassomero gakuuma abayizi nga balina bye bakola okumalako ssabbiiti yonna." }, { "english": "Some stubborn students escape from school before time.", "luganda": "Abayizi ab'effujjo abamu batoloka mu ssmero ng'obudde tebunnatuuka." }, { "english": "Schools find it hard to control spoilt children.", "luganda": "Essomero gazibuwalirwa okufuga abaana aboonoonefu." }, { "english": "I would rather put my child in a boarding school than a day.", "luganda": "Waakiri nteeka omwana wange mu kisulo okusinga okuva ewaka." }, { "english": "Parents need to be very strict on the movements of their children.", "luganda": "Abazadde beetaaga okuba abeegendereza ku ntambula z'abaana baabwe." }, { "english": "Poor methods can lead to learner's failure.", "luganda": "Enkola embi zisobola okuleetera okugwa kw'abasomi." }, { "english": "It is awful to send children to school without food.", "luganda": "Kibi nnyo okusindika abaana ku ssomero nga tebalina mmere." }, { "english": "The officer sensitized parents on the dangers of learning on an empty stomach.", "luganda": "Omukungu yategeezezza abazadde ku kabi k'okusonga ng'oli muyala." }, { "english": "My sister got low grades last term due to poor marking.", "luganda": "Mwannyinaze yafuna obubonero obubi olusoma oluwedde olw'okugololwa obubi." }, { "english": "A good teacher makes learning interesting to students.", "luganda": "Omusomesa omulungi afuula okusoma okunyuvu eri abayizi." }, { "english": "Some schools have a big number of pupils and small classrooms.", "luganda": "Amasomero agamu galina abayizi bangi n'ebibiina omusomebwa ebifunda." }, { "english": "The management has built houses for all teachers in school.", "luganda": "Akakiiko akafuzi kazimbidde abasomesa bonna mu somero amayumba." }, { "english": "In that year the school recorded the best performance ever.", "luganda": "Mu mwaka ogwo essomero lye lyasinga okukola obulungi ennyo." }, { "english": "The football federation registers new teams every season.", "luganda": "Ekibiina ky'omupiiira kiwandiisa ttiimu empya buli sizoni." }, { "english": "It requires a lot of money to sponsor a team in a league.", "luganda": "Kyetaagisa ssente nyingi nnyo okuyimirizaawo ttiimu mu liigi." }, { "english": "The football federation gave instructions to the new team yesterday.", "luganda": "Ekibiina ky'omupiira kyawadde ttiimu empya ebiragiro eggulo." }, { "english": "Many youths have benefited from football talent in Uganda.", "luganda": "Abavubuka bangi baganyuddwa mu kitone ky'omupiira mu Uganda." }, { "english": "All football clubs have supporters all over the country.", "luganda": "Ttiimu z'omupiira zirina abawagizi okwetooloola eggwanga." }, { "english": "The leader has rewarded the national football team for their excellent performance.", "luganda": "Abakulembeze asiimye ttiimu y'eggwanga ey'omupiira gw'ebigere olw'okukola obulungi." }, { "english": "The football federation picks talented players from all corners of the country.", "luganda": "Ekibiina ky'omupiira kiggya abazannyi ab'ebitone okuva mu z'eggwanga lyonna." }, { "english": "Some people are always left behind in developmental matters in their communities.", "luganda": "Abantu abamu balekebwa emabega mu nsonga z'enkulaakulana mu bitundu byabwe." }, { "english": "The club goalkeeper was falsely accused of defiling a fifteen-year-old girl.", "luganda": "Omukwasi wa ggoolo ya ttiimu yawaayiriziddwa okusobya ku muwala w'emyaka ekkumi n'etaano." }, { "english": "The region needs a stadium to host friendly matches as a way of practising.", "luganda": "Ekitundu kyetaaga ekisaawe okukyaza emipiira gy'omukwano ng'engeri y'okwegezaamu." }, { "english": "The club supporters are happy with the performance of their players.", "luganda": "Abawagizi ba ttiimu basanyufu n'enkola y'abazannyi baabwe." }, { "english": "Uganda has more than ten football clubs in the national league.", "luganda": "Uganda erina ttiimu ezisukka mu kkumi mu liigi y'eggwanga." }, { "english": "Football supporters like a winning team.", "luganda": "Abawagizi b'omupiira baagala ttiimu ewangula." }, { "english": "He called upon club supporters to keep the spirit high.", "luganda": "Yasabye abawagizi ba ttiimu okukuumira obuwagazi waggulu." }, { "english": "Big companies support football sport in the country year after year.", "luganda": "Kkampuni ennene ziwagira omupiira mu ggwanga mwaka ku mwaka." }, { "english": "The minister promised more government support to sports development in the country.", "luganda": "Minisita yasuubizza obuwagizi bwa gavumenti obulala okukulaakulanya ebyemizannyo mu ggwanga." }, { "english": "It is the best football team in the district.", "luganda": "Ye ttiimu y'omupiira esinga mu disitulikiti." }, { "english": "Clubs also get good players from national school competitions.", "luganda": "Ttiimu nazo ziuna abazannyi abalungi okuva mu mpaka z'eggwanga ez'amasomero." }, { "english": "These clubs employ many other people apart from players.", "luganda": "Ttiimu ziwa abantu abalala abangi emirimu ng'oggyeko abazannyi." }, { "english": "Teams also face challenges in running their activities throughout the year.", "luganda": "Ttiimu nazo zisanga okusoomoozebwa mu kuddukanya emirimu gyazo omwaka gwonna." }, { "english": "The district sports office has given out football Jerseys to all youth clubs.", "luganda": "Woofiisi y'ebyemizannyo ku disitulikiti ewadde ttiimu z'abavubuka zonna emijoozi." }, { "english": "He urged teams to take good care of themselves throughout the competition.", "luganda": "yakubirizza ttiimu zonna okwefaako obulungi okumalako empaka zonna." }, { "english": "Players are called upon to portray a good image in the community.", "luganda": "Abazannyi bakubiizibwa okulaga ekifaananyi ekirungi mu kitundu." }, { "english": "Big football clubs usually buy good players from small ones.", "luganda": "Ttiimu z'omupiira ennene zitera okugula abazannyi abalungi okuva mu ntono." }, { "english": "A good player had to be physically and mentally fit at all times.", "luganda": "Omuzanyi omulungi yalina okuba obulungi mu mubiri ne mu bwongo obudde bwonna." }, { "english": "Our village chairperson has organised a football tournament starting next week.", "luganda": "Ssentebe w'ekyalo kyaffe ategese empaka z'omupiira okutandika ne wiiki ejja." }, { "english": "The mayor gave the team a token of appreciation for winning the match yesterday.", "luganda": "Mmeeya yawadde ttiimu ekirabo ky'obugyebaza okuwngula omuzannyo eggulo." }, { "english": "Footballers need proteins to build and repair their bodies.", "luganda": "Abazannyi b'omupiira beetaaga emmere ezimba omubiri okuzimba n'okuddaabiriza emibiri gyabwe." }, { "english": "The organization brings food items that the community cannot access.", "luganda": "Ekitongole kireeta emmere abantu gye batasobola kufuna." }, { "english": "He will provide support with financial support to the team.", "luganda": "Ajja kuyamba ttiimu n'obuyambi bwa ssente." }, { "english": "A big tent was raised for the guests who will watch the football match.", "luganda": "Weema ennene yateereddwawo olw'abagenyi abanajja okulaba omupiira." }, { "english": "The locust invasion is the biggest in Uganda and Kenya in twenty years.", "luganda": "Okulumbibwa kw'enzige kwe kukyasinze amannyi mu Uganga ne Kenya mu myaka abiri." }, { "english": "The minister urged the community not to chase away these locusts.", "luganda": "Minisita yasabye abantu obutagoba nzige zino." }, { "english": "Since the locusts move randomly it's easy to control them.", "luganda": "Olw'okuba enzige zitambula lumu kyangu kya kuziziyiza." }, { "english": "Large swarms of locusts have invaded our country.", "luganda": "Ebibinja by'enzige ebinene byalumba eggwanga lyaffe." }, { "english": "When locusts attack the crops they destroy the whole agricultural economy.", "luganda": "Enzige bwe zirumba ebirime zoonoona ebyobulimi byonna." }, { "english": "They invaded from the eastern side of the country.", "luganda": "Zaalumbye okuva mu buvanjuba bw'eggwanga." }, { "english": "Female locusts lay many eggs at a time.", "luganda": "Enzige enkazi zibiika amagi mangi mu kaseera." }, { "english": "Young locust is the most dangerous of all the pests.", "luganda": "Enzige ento ze zisinga obulabe mu biwuka ebirya ebirime byonna." }, { "english": "Government has released forty million shillings to help in controlling the spread of locusts.", "luganda": "Gavumenti efulumizza obukadde bw'ensimbi ana okuyamba mu kulwanyisa okusaasaana kw'enzige." }, { "english": "There is a lack of trust in Ugandan leadership.", "luganda": "Waliwo obuteesigwa mu bukulembeze bwa Uganda." }, { "english": "The ministry reported the invasion of locusts.", "luganda": "Minisitule yayogedde ku kulumbibwa kw'enzige." }, { "english": "My father is an alcoholic.", "luganda": "Taata wange mutamiivu." }, { "english": "My father beats my mother.", "luganda": "Taata wange akuba maama wange." }, { "english": "What is your passion?", "luganda": "Osinga kwagala ki?" }, { "english": "There are several Muslim families in Uganda.", "luganda": "Mu Uganda mulimu amaka g'abasiraamu ag'enjawulo." }, { "english": "Muslims are in their fasting period.", "luganda": "Abasiraamu bali mu kisiibo kyabwe." }, { "english": "The mosque was renovated.", "luganda": "Omuzikiti baaguddaabiriza ." }, { "english": "Many Muslims go for prayers at Kibuli mosque.", "luganda": "Abasiraamu abasinga basaalira Kibuli ." }, { "english": "We doubt everything in his report.", "luganda": "Tubuusabuusa buli ekiri mu alipoota ye." }, { "english": "The number of Muslims is increasing.", "luganda": "Omuwendo gw'abasiraamu gweyongera ." }, { "english": "They arrested whoever was striking.", "luganda": "Baakwata buli eyali yeekalakaasa" }, { "english": "A new mosque is being built.", "luganda": "Omuzikiti omupya guli mu kuzimbibwa" }, { "english": "They had some disagreements.", "luganda": "Baalina obutakkaanya" }, { "english": "Muslims are forming associations to help the needy.", "luganda": "Abasiraamu bali mu kugunjaawo ebibiina okuyamba abatalina mwasirizi" }, { "english": "Boreholes were constructed during my regime.", "luganda": "Nnayikondo zaazimbibwa mu bukulembeze bwange." }, { "english": "Leaders advised their constituencies to live in harmony.", "luganda": "Abakulembeze baakubiriza ebitundu bye bakiikirira okuba obumu." }, { "english": "They demanded accountability of their taxes.", "luganda": "Baasaaba ensaasaanya y'omusolo gwabwe." }, { "english": "There are many mosques in Uganda.", "luganda": "Waliwo emizikiti mingi mu Uganda ." }, { "english": "They have been so silent since yesterday.", "luganda": "Babadde basirifu nnyo okuva eggulo." }, { "english": "The mosque is being renovated.", "luganda": "Omuzikiti guddaabirizibwa" }, { "english": "He told us to repent.", "luganda": "Yatugambye twenenye" }, { "english": "They were unhappy with the new administration.", "luganda": "Tebaali basanyufu n'obukulembeze obuggya." }, { "english": "The leaders had training in good leadership.", "luganda": "Abakulembeze baatendekeddwa mu enfuga ennungi" }, { "english": "Muslims had a religious workshop.", "luganda": "Abasiraamu baabadde n'olusirika ku ddiini." }, { "english": "Two team members fought after the football match.", "luganda": "Bammemba ba ttiimu babiri baalwana oluvannyuma lw'okusamba omupiira" }, { "english": "She was rewarded as the best netballer.", "luganda": "Yasiimiddwa ng'omubasi w'omupiira asinga ." }, { "english": "The football match is scheduled for tomorrow.", "luganda": "Omupiira guteekeddwayo nkya." }, { "english": "I did not watch the match.", "luganda": "Ssaalaba mupiira" }, { "english": "The football match was very competitive.", "luganda": "Omupiira gwali gwa kuvuganya nnyo." }, { "english": "The rugby match was exciting.", "luganda": "Omusannyi gwa lagibe gwali gunyuma ." }, { "english": "We have a soccer match tomorrow.", "luganda": "Tugenda okusamba omupiira enkya ." }, { "english": "The winners of the league will be announced tomorrow.", "luganda": "Abawanguzi ba liigi bajja kulangirirwa enkya ." }, { "english": "A new coach was appointed for our football team.", "luganda": "Ttiimu yaffe ey'omupiira gw'ebigere yafunye omutendesi omuggya." }, { "english": "They train for the match daily.", "luganda": "Beetegekera oluzannya buli lunaku ." }, { "english": "The game fixtures have not been made yet.", "luganda": "Enteekateeka enaagobererwa mu muzannyo tennakolebwa ." }, { "english": "New players have been signed into the team.", "luganda": "abazannyi abapya beegasse ku ttiimu." }, { "english": "Gender-based violence is increasing in Uganda.", "luganda": "Okutyoboola eddembe ly'obuntu okwesigamizibwa ku kikula kweyongera mu Uganda." }, { "english": "People do not really know the dangers of gender-based violence.", "luganda": "Mubutuufu abantu tebamanyi bulabe buli mu kutyoboola ddembe lya buntu eryesigamiziddwa ku kikula." }, { "english": "Steps are being taken to prevent gender-based violence.", "luganda": "Waliwo ekikolebwa okutangira okutyoboola ddembe ly'obuntu eryesigamiziddwa ku kikula." }, { "english": "Her behaviour has changed a lot.", "luganda": "Enneeyisa ye ekyuse nnyo ." }, { "english": "Women should stand up for their rights.", "luganda": "Abakyala balina okulwanirira eddembe lyabwe ." }, { "english": "They shared their experiences.", "luganda": "Baagabana obukugu bwabwe ." }, { "english": "He campaigned in very few villages.", "luganda": "Kakuyege yamukola mu byalo bitono nnyo." }, { "english": "He beat up his wife while he was drunk.", "luganda": "Yakuba mukyala we ng'atamidde ." }, { "english": "Husbands should respect their wives.", "luganda": "Abaami balina okuwa bakyala baabwe ekitiibwa ." }, { "english": "We need to end gender-based violence.", "luganda": "Tulina okukomya obutabanguko obuva ku kikula." }, { "english": "The crime rate in Uganda has reduced.", "luganda": "Obuzzi bw'emisango bukendedde mu Uganda." }, { "english": "There are many causes of gender-based violence.", "luganda": "Waliwo ebireeta obutabanguko obwesigamiziddwa ku kikula bingi." }, { "english": "Her husband terribly beat her up.", "luganda": "Omwami we yamukuba bubi nnyo ." }, { "english": "There are kickboxing competitions this weekend.", "luganda": "Waliyo empaka z'ensambaggere ssabbiiti eno." }, { "english": "Many people turned up for the sports gala.", "luganda": "Abantu bangi bajja okuwagira emizannyo." }, { "english": "It has been long since I last fought.", "luganda": "Ebbanga libaddde ddene okuva lwe nakoma okulwana ." }, { "english": "Football is a very popular sport.", "luganda": "Omupiira gw'ebigere muzannyo mumanyifu nnyo." }, { "english": "People should exploit their talents.", "luganda": "Abantu balina okukozesa ebitone byabwe ." }, { "english": "There is no requirement for one to join the school football team.", "luganda": "Teri kyetaagisa omuntu okwegatta ku ttiimu y'essomero ey'omupiira gw'ebigere." }, { "english": "We do not know the guest of honour.", "luganda": "Tetumanyi mugenyi mukulu" }, { "english": "Sick people should not play football.", "luganda": "Abalwadde tebalina kuzannya mupiira" }, { "english": "Talents can be exploited to generate income.", "luganda": "Ebitone bisobola okukozesebwa okufunamu ensimbi ." }, { "english": "His daughter dropped out of school and joined the national netball team.", "luganda": "Muwala we yava mu ssomero ne yeegatta ku ttiimu y'eggwanga ey'okubaka." }, { "english": "My hobby is playing football.", "luganda": "Nnyumirwa nnyo okuzannya omupiira" }, { "english": "People are still hopeful.", "luganda": "Abantu bakyalina essuubi" }, { "english": "They disclosed the project budget.", "luganda": "Tebaalambulula mbalirira ya pulojekiti." }, { "english": "They also offered some equipment to be used for the project.", "luganda": "Nabo baawaayo ku binaakozesebwa byeyambisibwe mu pulojekiti." }, { "english": "The project aims to provide clean and affordable water.", "luganda": "Pulojekiti eruubirira kuwa mazzi mayonjo ku bisale ebisoboka." }, { "english": "Very many people are living below the poverty line.", "luganda": "Abantu bangi bali mu bwavu obungi ennyo nnyini ddala." }, { "english": "I was shocked when I was told that my father had died.", "luganda": "Nafunamu ekyekango bwe nagambibwa nti taata wange yali afudde ." }, { "english": "They achieved all the project's objectives.", "luganda": "Baafuna ebigendererwa bya pulojekiti byonna." }, { "english": "The Bishop urged us to pray about all situations.", "luganda": "Omwepisikoopi yatusaba tusabire buli mbeera." }, { "english": "The Bishop was grateful to all church leaders.", "luganda": "Omwepisikoopi yabadde musanyufu eri abakulembeze b'ekkanisa." }, { "english": "We were encouraged to spread the word of God.", "luganda": "Twakubirizibwa okubunyisa ekigambo kya Katonda." }, { "english": "He belongs to a very prayerful family.", "luganda": "Ava mu maka amasabi ennyo." }, { "english": "They move long distances to access water.", "luganda": "Batambula engendo mpanvu okufuna amazzi." }, { "english": "We have had no access to water since yesterday.", "luganda": "Tubadde tetulina mazzi okuva eggulo." }, { "english": "Houses in wetlands have poorly constructed toilets.", "luganda": "Enyumba eziri mu ntobazi zirina kaabuyoonjo ezaazimbibwa obubi." }, { "english": "All water sources are very far away from our house.", "luganda": "Ebifo ebisangibwamu amazzi biri wala n'enju yaffe." }, { "english": "A borehole should be constructed near our house.", "luganda": "Nnayindo erina okuzimbibwa kumpi n'enju yaffe." }, { "english": "Many women grow vegetables.", "luganda": "Abakyala bangi balima enva endiirwa." }, { "english": "They requested the district engineer to facilitate construction of a borehole.", "luganda": "Baasaaba yinginiya wa disitulikiti okubayambako okuzimba nnayikondo." }, { "english": "The project is being monitored.", "luganda": "Pulojekiti yalondoolwa." }, { "english": "Water is a basic need of life.", "luganda": "Amazzi kyetaago bu bulamu obwa bulijjo." }, { "english": "We should not be selfish.", "luganda": "Tetulina kweyagaliza ffeka." }, { "english": "We should be grateful to God for the rain.", "luganda": "Tulina okwebaza Katonda olw'enkuba ." }, { "english": "Plants should be irrigated.", "luganda": "Ebirime birina okufukirirwa." }, { "english": "He loaded the jerry cans onto his bicycle.", "luganda": "Yattikka ebiddomola ku ggaali ye." }, { "english": "So many animals died last night.", "luganda": "Ensolo nnyingi ezaafa ekiro ekyayita." }, { "english": "They shot him before robbing him.", "luganda": "Baamukuba amasasi nga tebannamubba." }, { "english": "There is a high crime rate in Uganda.", "luganda": "Waliwo obuzzi bw'emisango bungi mu Uganda." }, { "english": "The murderers are still unknown.", "luganda": "Abatemu tebannamanyika." }, { "english": "He was shot dead.", "luganda": "Yakubibwa amasasi agaamuttirawo." }, { "english": "The deceased was taken for a postmortem.", "luganda": "Omulambo gwatwalibwa okukeberebwa." }, { "english": "The murder case should be investigated.", "luganda": "Omusango gw'obutemu gulina okunoonyerezebwako." }, { "english": "We do not know why he was murdered.", "luganda": "Tetumanyi lwaki yatemulwa." }, { "english": "A policeman was shot dead.", "luganda": "Omusirikale yakubibwa amasasi agaamuttirawo." }, { "english": "The guard's gun was stolen.", "luganda": "Emmundu y'omukuumi yabbibwa." }, { "english": "He was arrested for misconduct during the campaign.", "luganda": "Yakwatibwa olw'okweyisa obubi mu kakuyege." }, { "english": "His phone was also stolen.", "luganda": "N'essimu ye nayo yabbibwa." }, { "english": "All the theft cases were reported to the police.", "luganda": "Emisango gy'obubbi gyonna gyawawaabirwa ku poliisi." }, { "english": "People are investigating a lot in agriculture.", "luganda": "Abantu bateeka ssente nnyingi mu byobulimi n'obulunzi." }, { "english": "People are practising mixed farming.", "luganda": "Abantu bajjumbidde ennima entabiikirize." }, { "english": "Coffee is grown across the country.", "luganda": "Emmwanyi zirimibwa okwetooloola eggwanga lyonna." }, { "english": "People are venturing into fisheries these days.", "luganda": "Abantu beenyigidde mu buvubi ennaku zino." }, { "english": "Different initiatives have been made to promote agriculture.", "luganda": "Empenda ez'enjawulo zitemeddwa okutumbula byobulimi n'obulunzi." }, { "english": "The chairman addressed the community members.", "luganda": "Ssentebe yayogeddeko eri abatuuze be." }, { "english": "Volunteering is good practice.", "luganda": "Obwannakyewa kikolwa kirungi." }, { "english": "People with money engage in agricultural activities.", "luganda": "Abantu abalina ssente beenyigira mu byobulimi ." }, { "english": "The government has provided seeds to the farmers.", "luganda": "Gavumenti ewadde abalimi ensigo ." }, { "english": "The ministry should ensure a ready market for agricultural produce.", "luganda": "Minisitule erina okunoonya akatale k'ebikungulibwa." }, { "english": "Some farmers should specialise in crops while others in animals.", "luganda": "Abalimi abamu balina kwemalira ku birime ate abalala mu bisolo ." }, { "english": "The district should effectively plan for agricultural activities in the area.", "luganda": "Disitulikiti erina okuteekerateekera obulungi ebyobulimi mu kitundu ." }, { "english": "The district needs farmers who can plant cassava.", "luganda": "Disitulikiti yeetaaga abalimi abasobola okusimba mawogo." }, { "english": "Farmers should work together to improve productivity.", "luganda": "Abalimi balina okukolera awamu okwongera ku bikungulibwa." }, { "english": "The district needs to provide transport facilities to the extension workers.", "luganda": "Disitulikiti yeetaaga okuwa abalimisa entambula." }, { "english": "The government provided tractors to the farmers.", "luganda": "Gavumenti yawa abalimi ttulakita." }, { "english": "The ministry has divided the farmers into maize coffee rice and cassava growers.", "luganda": "Minisitule egabanyizzaamu abalimi mu ba kasooli emmwanyi omuceere ne muwogo." }, { "english": "Most universities in Uganda are producing fake engineers.", "luganda": "Ssetendekero ezisinga mu Uganda zifulumya bayinginiya ebeekibogwe ." }, { "english": "Engineers should work with global organisations to enhance their skills.", "luganda": "Bayinginiya balina okukola n'ebitongole by'ensi yonna okusobola okwongera ku bukugu bwabwe ." }, { "english": "Engineers organised a conference to strategize on how to improve the field.", "luganda": "Bayinginiya baategeka o olukugaana okutema empenda z'okutumbula omulimu gwabwe ." }, { "english": "Laboratories in schools are not well facilitated.", "luganda": "Amakeberero mu masomero tegaliimu byetaagisa." }, { "english": "Majority of the people working on Karuma dam are expatriates.", "luganda": "Abantu abasinga abakola ku bbibiro lya Karuma bakugu ." }, { "english": "Engineers are essential in technological advancement.", "luganda": "Bayinginiya ba mugaso mu kutumbula tekinologiya" }, { "english": "Engineers should create a professional uniting body.", "luganda": "Bayinginiya balina okutondawo ekibiina ekibagatta." }, { "english": "The number of engineers under registration is limited.", "luganda": "Omuwendo gwa bayinginiya abawandiise mutono." }, { "english": "There are few female engineers in the country.", "luganda": "Bayinginiya abakyala batono mu ggwanga." }, { "english": "The institute focuses on improving technology and advancing project management.", "luganda": "Ettendekero lifa ku kutumbula tekinologiya n'okutwala mu maaso pulojekiti." }, { "english": "Students with extraordinary projects were rewarded with one thousand pounds.", "luganda": "Abayizi abalina pulojekiti ensukkulumu baaweereddwa paawunda lukumi." }, { "english": "The government has enhanced practical skills by establishing technical institutes.", "luganda": "Gavumenti etumbudde eby'emikono ng'eteekawo amatendekero g'ebyemikono." }, { "english": "The leaders should make sure that people are equipped with the necessary skills.", "luganda": "Abakulembeze balina okukakasa nti abantu bafuna obukugu obwetaaga." }, { "english": "Technical and vocational education has been introduced in several districts in Uganda.", "luganda": "Okusomesa kw'ebyemikono kutongozeddwa mu distitulikiti ez'enjawulo mu Uganda." }, { "english": "Polygamy has encouraged the spread of acquired immune deficiency syndrome.", "luganda": "Okuwasa abakyala abangi kireetedde okusaasaana kw'ekirwadde kya mukenenya." }, { "english": "Youths have many partners which ease the spread of the disease.", "luganda": "Abavubuka balina abaagalwa bangi ekyanguya okusaasaana kw'obulwadde." }, { "english": "Youths do not use protection when they engage in sex.", "luganda": "Abavubuka tebeetangira nga beegatta." }, { "english": "Five hundred six people are on antiretroviral drugs.", "luganda": "Abantu bitaano mu mukaaga be bali ku ddagala eriweweeza akawuka." }, { "english": "The number of youths who have contracted the disease increases every month.", "luganda": "Omuwendo gw'abavubuka abakwatiddwa obulwadde gweyongera buli mwezi." }, { "english": "Youths should be informed about the dangers of the human immune virus.", "luganda": "Abavubuka balina okumanyisibwa ku bulabe bw'akawuka akaleeta mukenenya." }, { "english": "People should go for medical check-ups.", "luganda": "Abantu balina okugenda okukeberebwa." }, { "english": "The health officers have extended testing and counselling services to the people.", "luganda": "Abasawo basembezza empeereza z'okukebera n'okubudaabuda eri abantu." }, { "english": "The virus is mostly found in areas with many people.", "luganda": "Akawuka kasinga kusangibwa mu bitundu omuli abantu abangi." }, { "english": "The district should distribute condoms to the people.", "luganda": "Distitulikiti erina okugabira abantu obupiira bu kalimpitawa" }, { "english": "Human immune virus cases are mostly found in fishers.", "luganda": "Akawuka akaleeta mukenenya kasinga kusangibwa mu bavubi." }, { "english": "There is prostitution among girls in the area.", "luganda": "Abawala abali mu kitundu bakola obwa malaaya." }, { "english": "Parents should take very good care of their children.", "luganda": "Abazadde balina okulabirira obulungi abaana baabwe." }, { "english": "Most of the people who contracted the virus are drunkards.", "luganda": "Abantu abasinga abaafuna akawuka batamiivu." }, { "english": "People do not use protection when drunk.", "luganda": "Abantu tebeekuuma nga batamidde." }, { "english": "People have not been sensitized about the dangers of the virus.", "luganda": "Abantu tebasomeseddwa ku bulabe bw'akawuka." }, { "english": "People are negligent and are not concerned about the existence of the virus.", "luganda": "Abantu tebeefiirayo ku kubeerawo kw'akawuka." }, { "english": "Early marriages have brought about teenage pregnancies.", "luganda": "Okufumbirwa amangu kuviiriddeko okufuna embuto mu bavubuka." }, { "english": "Our church celebrated its silver jubilee three years back.", "luganda": "Ekkanisa yaffe yajjaguza okuweza emyaka abiri mu ettaano emyaka esatu emabega." }, { "english": "The prevalent rate of the virus is nearly four per cent in West Nile.", "luganda": "Emisinde akawuka kwe kali mu West Nile gikunukkiriza bitundu bina ku buli kikumi." }, { "english": "The clean energy project has provided people with employment opportunities.", "luganda": "Pulojekiti y'amasannyalaze ewadde abantu emirimu." }, { "english": "People have sold energy products which have increased their income levels.", "luganda": "Abantu batunze ebintu by'amasannyalaze ekyongedde ku nnyingiza yaabwe." }, { "english": "People have acquired skills through engaging in the manufacture of stoves.", "luganda": "Abantu bafunye obukugu okuyita mu kukola sitoovu." }, { "english": "The district has reduced the level of respiratory cases.", "luganda": "Disitulikiti ekeendezeza ku muwendo gw'abantu abalina obuzibu mu kussa." }, { "english": "People reduced fuel expenditure.", "luganda": "Abantu baakendeeza okusaasaanya ku mafuta." }, { "english": "People replaced firewood with the solar lighting system.", "luganda": "Abantu baasikiza amasannyalaze g'amaanyi g'enjuba mu kifo ky'enku." }, { "english": "Some people could not afford solar lighting systems and energy-saving stoves.", "luganda": "Abantu abamu tebasobola kwetusaako masannyalaze ga maanyi ga njuba ne ssigiri ezikekkkereza amasannyalaze." }, { "english": "The solar system is very expensive for people to buy.", "luganda": "Amasannyalaze g'enjuba ga buseere abantu okugagula." }, { "english": "The solar system can easily be affected by the rats.", "luganda": "Amasannyalaze g'enjuba gasobola okwonoonebwa amangu emmese ." }, { "english": "The product registered limited sales because the leaders were not involved.", "luganda": "Ekyamaguzi kyatundiddwa kitono kubanga abakulembeze tebeenyigiddemu." }, { "english": "Most of the solar systems were not purchased by the people.", "luganda": "Amasannyalaze g'enjuba agasinga tegaagulibwa bantu." }, { "english": "The company lacks finances to produce more solar systems.", "luganda": "Kampuni terina ssente kufulumya masannyalaze ga njuba malala." }, { "english": "People lack the income to go for entertainment activities.", "luganda": "Abantu tebalina ssente kugenda kwesanyusaamu." }, { "english": "There was violence in the Arua municipality by-election.", "luganda": "Waaliwo obutabanguko mu kuddamu akalulu mu munisipaali ya Arua." }, { "english": "The security in the village was increased.", "luganda": "Ebyokwerinda mu kyalo byayongezebwa." }, { "english": "People love comedy and fun.", "luganda": "Abantu baagala katemba." }, { "english": "The consistent jokes from the comedians entertained people.", "luganda": "Ebisesa bya kazannyiikirizi ebitakoma byanyumidde abantu." }, { "english": "Comedy was done in the local language.", "luganda": "Katemba yakolebwa mu lulimi olunnansi." }, { "english": "The hotel managers promised to organise comedy shows frequently.", "luganda": "Abakulira wooteeri baasubiza okutegekanga endaga za katemba buli kaseera." }, { "english": "People were many and others watched from the projector.", "luganda": "Abantu baali bangi era abalala baalabira ku lutimbe." }, { "english": "People enjoyed themselves and got drunk.", "luganda": "Abantu baasanyuse era ne batamiira." }, { "english": "The parliament has lost one of its comrades.", "luganda": "Paalamenti efiiriddwa omu ku bakiise baayo." }, { "english": "The member of parliament was aged seventy-six when he died.", "luganda": "Omukiise mu paalamenti yabadde n'emyaka nsanvu mu mukaaga we yafiiridde." }, { "english": "The member of parliament missed the wedding ceremony.", "luganda": "Omukiise wa paalamenti teyabadde ku mukolo gwa mbaga." }, { "english": "The members of parliament supported ideas that could solve people's problems.", "luganda": "Abakiise ba paalamenti baawagira ebirowoozo ebiyinza okugonjoola ebizibu by'abantu" }, { "english": "The constitution of the Republic of Uganda is not respected in the country.", "luganda": "Ssemateeka w'eggwanga lya Uganda taweebwa kitiibwa." }, { "english": "Uganda has a poor health system.", "luganda": "Uganda erina ebyobujjanjabi ebibi." }, { "english": "The hospitals lack drugs to treat people.", "luganda": "Amalwaliro tegaliimu ddagala kujjanjaba bantu ." }, { "english": "The parliamentarian worked with both the Uganda people's congress and the national resistance movement.", "luganda": "Omukiise mu paalamenti yaliko mu Uganda people's congress ne National resistance movement." }, { "english": "People should work together despite their political affiliations.", "luganda": "Abantu balina okukolera awamu nga tebafudde ku nzikiriza zaabwe mu byobufuzi." }, { "english": "People should always be united.", "luganda": "Abantu balina okubeera obumu." }, { "english": "People should always agree to disagree because they will outlive the political parties.", "luganda": "Abantu balina okukkiriza obutakkaanya kubanga bajja kuwangaalira mu bibiina by'ebyobufuzi." }, { "english": "People should be patriotic and enhance the country's development.", "luganda": "Abantu balina okkwagala eggwanga kiyambeko okutumbula enkulaakulana y'eggwanga." }, { "english": "The parliamentarian was a father of five.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti yalina abaana bataano." }, { "english": "Refugees were trained to cook food.", "luganda": "Abanooyiboobubudamu baatendekeddwa okufumba emmere." }, { "english": "People will be able to work in restaurants.", "luganda": "Abantu bajja kusobola okukola mu ttonninnyira." }, { "english": "Chefs taught these people.", "luganda": "Abafumbi abaami baasomesa abantu bano." }, { "english": "Food is prepared under the supervision of the chef.", "luganda": "Emmere etegekebwa mu kulondoolwa kw'omufumbi." }, { "english": "The event aimed at promoting culture.", "luganda": "Omukolo gwagendde kutumbula byabuwangwa." }, { "english": "The celebrations took place in the refugee camps.", "luganda": "Ebikujjuko byali mu nkambi z'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "South Sudan refugees prepared the meals.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu b'e South Sudan baategeka emmere." }, { "english": "People should always promote their culture.", "luganda": "Abantu bulijjo balina okutumbula ebyobuwangwa byabwe." }, { "english": "The refugees were able to promote the culture.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu baasobola okutumbula ebyobuwangwa." }, { "english": "A new school was officially opened in the area.", "luganda": "Essomero eppya lyagguddwawo mu butongole mu kitundu." }, { "english": "Refugees have been able to engage in agricultural activities despite the existing challenges.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu basobodde okwenyigira mu byobulimi newankubadde waliwo ebibasoomooza." }, { "english": "The government-sponsored some refugee girls to study home economics and catering.", "luganda": "Gavumenti yayamba abawala abanoonyiboobubudamu abamu okusoma enfuna y'omu maka n'okufumba" }, { "english": "The government will provide skills to refugee girls and agricultural equipment to refugee farmers.", "luganda": "Gavumenti ejja kuwa abawala abanoonyiboobubudamu obukugu n'ebikozesebwa mu kulima eri abanoonyiboobubudamu abalimi." }, { "english": "The training program was cancelled due to political instabilities.", "luganda": "Pulogulaamu y'okutendekebwa yasaziddwamu olw'obutabanguko mu byobufuzi." }, { "english": "Young girls get money from making doughnuts cakes and chapati.", "luganda": "Abalala abato bafuna ssente mu kukola doonanti keeki ne chapati." }, { "english": "These girls have undertaken internship programs in hotels.", "luganda": "Abalala bano babadde ku pulogulaamu y'okwegezaamu mu wooteeri ." }, { "english": "The girls get money and support their siblings in school.", "luganda": "Abawala bafuna ssente ne bayambako ku baganda baabwe mu ssomero." }, { "english": "She got a passion for catering from selling mandazi.", "luganda": "Yafuna obwagazi mu kufumba oluvannyuma lw'okutunda amandaazi." }, { "english": "Boys should be trained so that they engage in commercial activities.", "luganda": "Abalenzi balina okutendekebwa basobole okwenyigira mu by'obusuubuzi." }, { "english": "Primary schools are being introduced in the area.", "luganda": "Amasomero ga pulayimale gazimbibwa kitundu." }, { "english": "Women were equipped with skills to make sanitary pads.", "luganda": "Abalala baaweereddwa obukugu okukola ppamba w'ekikyala." }, { "english": "The member of parliament organised the training program.", "luganda": "Omukiise mu paalamenti yategeka omusomo gw'okutendekebwa." }, { "english": "Young girls lacked pads to manage menstrual periods.", "luganda": "Abawala abato tebaalina ppamba wa kikyala okukwasaganya ensoonga zaabwe ez'ekikyala." }, { "english": "Women should be provided with leadership training opportunities.", "luganda": "Abakyala balina okutendekebwa mu by'obukulembeze." }, { "english": "Through baking women can increase their income.", "luganda": "Abakyala basobola okwongera ku ssente zaabwe nga bayita mu kukola ebintu ebiva mu ngano." }, { "english": "An international organization is training women to make their own sanitary pads.", "luganda": "Ekibiina ky'ensi yonna kitendeka abakyala okwekolera ppamba w'ekikyala." }, { "english": "What is gender justice?", "luganda": "Obwenkanya mu kikula kye ki?" }, { "english": "Women who are trained in turn train others who benefit from the skills.", "luganda": "Abakyala abatendekeddwa oluvannyuma batendeka abalala abaganyulwa mu bukugu." }, { "english": "Handbags can easily be made out of beads.", "luganda": "Ensawo z'okukwata mu ngalo zisobola okukolebwa mu mbira." }, { "english": "The leader thanked the women for participating actively in training.", "luganda": "Omukulembeze yeebaza abakyala olw'okwenyigira obutereevu mu kutendekebwa." }, { "english": "We need money to secure more building materials.", "luganda": "Twetaaga ssente okusobola okufuna ebizimbisibwa ebirala ." }, { "english": "Loan schemes have supported women and youth groups.", "luganda": "Enteekateeka z'okwewola ziyambye abakyala n'ebibiina by'abavubuka." }, { "english": "Craft is a very good activity that should be taught to women and children.", "luganda": "Okuluka mulimu mulungi ogwetaaga okusomesa abakyala n'abaana." }, { "english": "Through the project I gained tailoring skills which have helped me earn more income.", "luganda": "Oluvannyuma lwa pulojekiti nafuna obukugu mu kutuunga ekinnyambye okwongera ku nnyingiza yange." }, { "english": "Money should always be set aside to help women.", "luganda": "Essente zirina okuteekebwa ku bbali okuyamba abakyala." }, { "english": "This years' national football league was interrupted by the pandemic.", "luganda": "Omupiira ogutaba amawanga ogw'omwaka guno gwataataaganyizibwa ekirwadde bbunansi." }, { "english": "Uganda football federation signed a new coach for the national team.", "luganda": "Ekibiina ky'omupiira gw'ebigere mu Uganda kyakansizza omutendesi omuggya wa ttiimu y'eggwanga." }, { "english": "Some players were not included in the current national team due to indiscipline.", "luganda": "Abazannyi abamu tebaateekeddwa ku ttiimu y'eggwanga olw'obusiiwuufu bw'empisa." }, { "english": "The club supporters are not happy with the team's current performance.", "luganda": "Abawagizi ba ttiimu si basanyufu olw'engeri ttiimu yaabwe gy'ekolamu ensangi zino." }, { "english": "The minister of sports has officially opened the school sports competition.", "luganda": "Minisita w'ebyemizannyo mu butongole aguddewo empaka z'amasomero ez'ebyemizannyo." }, { "english": "Some Ugandan footballers play for big clubs in other countries.", "luganda": "Abamu ku bazannyi b'omupiira mu Uganda bazannyira ttiimu ennene mu nsi endala." }, { "english": "The federation needs to construct more football grounds which fit international standards.", "luganda": "Ekibiina kyetaaga kuzimba bisaawe bisaawe bya mupiira birala ebinaaba ku mutindo gw'ensi yonna." }, { "english": "Sports journalists play a great role in promoting football in Uganda.", "luganda": "Bannamawulire b'ebyemizannyo bakola omulimu okutumbula omupiira mu Uganda." }, { "english": "Our football team participated in the African cup last year.", "luganda": "Ttiimu yaffe ey'omupiira gw'ebigere yeetaba mu mpaka za Africa ez'akamalirirzo omwaka oguwedde." }, { "english": "Football is the most supported sport in the country.", "luganda": "Omupiira gw'ebigere gwe muzannyo ogusinga okuwagirwa mu ggwanga." }, { "english": "One of Uganda's pioneer football journalists died last month.", "luganda": "Omu ku bannamawulire baatandikawo obw'amawulire bw'omupiira gw'ebigere yafa omwezi oguwedde." }, { "english": "Our football club has won the district tournament of the year.", "luganda": "Ttiimu yaffe ey'omupiira gw'ebigere ewangudde empaka za disitulikiti ez'omwaka." }, { "english": "The federation of football has awarded the best players of the season.", "luganda": "Ekibiina ekiddukanya omupiira gw'ebigere kisiimye abazannyi abasinze mu sizoni." }, { "english": "New football clubs in the league have few supporters compared to old ones.", "luganda": "Ttiimu z'omupiira empya mu liigi zirina abawagizi batono bw'ogeraageranya n'enkadde." }, { "english": "To be a successful footballer you need to be talented and disciplined.", "luganda": "Okuba omusambi w'omupiira omuwanguzi weetaaga okuba n'ekitone wamu n'empisa." }, { "english": "The coach promised to lead the club to victory in the forthcoming season.", "luganda": "Omutendesi yasuubizza okutuusa ttiimu ku buwanguzi sizoni ejja." }, { "english": "Our team has lost all three games played so far.", "luganda": "Ttiimu yaffe esudde emipiira gyonna esatu egyakazannyibwa." }, { "english": "He used the official car for his own personal needs.", "luganda": "Yakozesezza emmotoka y'ekitongole olw'ebigendererwa bye." }, { "english": "He went into hiding after reportedly embezzling funds.", "luganda": "Yeekwese oluvannyuma lw'ebigambibwa nti yakumpanya ssente." }, { "english": "In what urgent situations can police enter my home?", "luganda": "Mbeera ki etalinda poliisi mw'eyinza okuyingirira mu maka gange?" }, { "english": "His office was responsible for supplying leguminous seeds to groups in the community.", "luganda": "Woofiisi ye ye yali evunaanyizibwa ku kubunyisa ensigo z'empeke eri ebibinja mu kitundu." }, { "english": "The group leaders claim to have made payments in the cashier's office.", "luganda": "Abakulira ebibiinja bagamba nti baasasula mu woofiisi y'omuwanika." }, { "english": "The cashier disappeared with the company money worth five hundred Ugandan shillings.", "luganda": "Omuwanika yabula ne ssente za kampuni ezibalirirwamu nnusu bitaano eza Uganda." }, { "english": "The beehive suppliers complained that they had not been paid.", "luganda": "Abatunzi b'emizinga gy'enjuki beemulugunyizza nti tebannasasulwa." }, { "english": "He persuaded the group leaders to make cash payments in his office.", "luganda": "Yasikirizza abakulembeze b'ebibinja okusasula ssente ezoobuliwo mu woofiisi ye." }, { "english": "Some of the villages never received the seeds yet they made payments.", "luganda": "Ebyalo ebimu tebyafuna nsigo ate nga byasasula." }, { "english": "There is no reason why bee suppliers have not received the money.", "luganda": "Tewali nsonga lwaki bakitunzi b'enjuki tebannaba kufuna nsimbi." }, { "english": "The cash office was handed over to the accountant.", "luganda": "Woofiisi y'ebyensimbi yaweereddwayo eri omubalirizi w'ebitabo." }, { "english": "He was supposed to present a hand over-report.", "luganda": "Yali ateekeddwa okwanjula alipoota y'okuwaayo yafesi." }, { "english": "Police don't tolerate people who exploit others in society.", "luganda": "Poliisi tegumiikiriza bantu batyoboola eddembe lya bannabwe mu kitundu." }, { "english": "The company opened a case against him.", "luganda": "Kampuni yamuggulako omusango." }, { "english": "Their search was unfruitful.", "luganda": "Tebaaganyulwa mu kunoonyereza kwabwe." }, { "english": "He will be highly charged for embezzlement of public money.", "luganda": "Ajja kuvunaanwa nnyo ogw'okubulankanya ssente z'omuwi w'omusolo ." }, { "english": "The police have opened a general enquiry file to investigate the allegations.", "luganda": "Poliisi egguddewo fayiro okwongera okunoonyereza ku ebyo ebigambibwa." }, { "english": "The journalists tried to reach him but all his phone numbers were off.", "luganda": "Bannamawulire baagezaako okumufuna naye ennamba z'amasimu ge gonna tezaaliko." }, { "english": "Piggybank can be a great way to teach children the importance of saving.", "luganda": "Okutereka mu kabokisi y'engeri ennungi ey'okutendekamu abaana obulungi obw'okuteleka ensimbi." }, { "english": "They were trained in banking and saving.", "luganda": "Baabangulwa mu by'okutereka." }, { "english": "She advised women to open up bank accounts as a way of saving money.", "luganda": "Yakubirizza abakyala okuggulawo akawunti mu bbanka nga engeri y'okutereka ensimbi." }, { "english": "Last year my sister bought a piece of land from her savings.", "luganda": "Omwaka oguwedde muganda wange yagula ettaka okuva mu nsimbi ze yali atereka." }, { "english": "Most people in rural areas save their money using small wooden boxes.", "luganda": "Abantu abasinga mu byalo batereka ensimbi zaabwe mu bubookisi obukoleddwa mu mbaawo." }, { "english": "Banks keep people's money more safely than keeping it in the house.", "luganda": "Bbanka zitereka bulungi ssente z'abantu okusinga okuzitereka mu nnyumba." }, { "english": "Some banks offer lower interest rates to their customers.", "luganda": "Banka ezimu ziwa bakasitoma baazo amagoba kwe bewolera amatono." }, { "english": "She called for unity among the women groups.", "luganda": "Yakubiriza obumu mu bibiina by'abakyala." }, { "english": "There is a group of women who earn money from cake baking.", "luganda": "Waliwo ekibiinja ky'abakyala ekifuna ensimbi mu kufumba keeki." }, { "english": "Most Ugandan women spend a lot of money on cosmetics.", "luganda": "Abakyala ba Uganda abasinga basaasaanya ssente nnyingi ku by'okwewunda." }, { "english": "Farming is very profitable in rural areas.", "luganda": "Obulimi bulimu nnyo amagoba mu byalo." }, { "english": "She has used the money to start up a vegetable garden on one acre of land.", "luganda": "Akozesezza ssente okutandikawo ennimiro y'enva endiirwa ku bugazi bw'ettaka lya yiika emu." }, { "english": "In rural areas women still don't have access to the financial system.", "luganda": "Mu byalo abakyala tebayina busobozi butuuka ku muyingiro gwa bya nsimbi." }, { "english": "The church has established a hospital on one of its land in town.", "luganda": "Ekkanisa eziimbye eddwaliro ku limu ku ttaka lyayo mu kibuga." }, { "english": "Christians support their churches financially in doing their work.", "luganda": "Abakulisitu bawanirira amakanisa gaabwe mu by'ensimbi okusobola okukola emirimu gy'ago." }, { "english": "Among all churches in Uganda the catholic church has more land.", "luganda": "Mu makanisa gonna agali mu Uganda ab'ekereziya be basinga ettaka ddene." }, { "english": "Over two hundred children were baptised by the bishop last Sunday.", "luganda": "Abaana abasoba mu bikumi ebibiri baabatiziddwa omulabirizi ku sande eyaggwa." }, { "english": "He was arrested for stealing church land.", "luganda": "Yakwatibwa olw'okubba ettaka ly'ekkanisa." }, { "english": "Centenary bank is a project for catholic church.", "luganda": "Bbanka ya Centenary pulojekiti ya kereziya ey'abakatoliki." }, { "english": "The government contributed money during the renovation of the Uganda martyrs' shrine.", "luganda": "Gavumenti yawaayo ensimbi mu kuddaabiriza ekiggwa ky'abajulizi." }, { "english": "The church founded the only vocational school in the district.", "luganda": "Ekkanisa ye yatandikawo essomero ery'ebyemikono lyokka mu disitulikiti." }, { "english": "Children learn many things from Sunday school activities.", "luganda": "Abaana bayiga ebintu bingi okuva mu bye bakola mu Sunday school." }, { "english": "Educated people are more successful than uneducated ones.", "luganda": "Abantu abasomye bakulaakulanye nnyo okusinga abatasomye." }, { "english": "Majority of church founded schools are academic giants in the country.", "luganda": "Amasomero agasinga agazimbiddwa ku musingi gw'ekereziyai ge gasinga mu by'enjigiriza" }, { "english": "Killers deserve to be imprisoned for the rest of their lives.", "luganda": "Abatemu bagwana kussibwa mu nkomyo ebbanga lyabwe lyonna." }, { "english": "Lawyers apply many skills to win cases.", "luganda": "Ba puliida bakozesa obukodyo bungi okuwangula emisango." }, { "english": "Retired judges were called back due to the many pending cases in the ministry.", "luganda": "Abalamuzi abaawummula baayitibwa olw'emisango emingi egyali teginnakolwako mu minisitule." }, { "english": "The president appointed a new chief justice.", "luganda": "Omukulembeze w'eggwanga yalonda omulamuzi omukulu omupya." }, { "english": "The president appointed a new chief justice this year.", "luganda": "Omwaka guno pulezidenti yalonda ssaabalamuzi omuggya." }, { "english": "Some lawyers are too corrupt in their work.", "luganda": "Bannamateeka abamu balya nnyo enguzi mu mirimu gyabwe." }, { "english": "Majority of Ugandans are ignorant about their constitutional rights.", "luganda": "Bannayuganda abasinga tebamanyi ddembe lya baweebwa ssemateeka." }, { "english": "The rich always oppress the poor in many legal cases.", "luganda": "Abaggaga banyigiriza abaavu mu misango gy'amateeka egisinga." }, { "english": "In some villages criminal cases are settled by the elders.", "luganda": "Mu byalo ebimu obuzzi bw'emisango bugonjoolwa bakulu." }, { "english": "His case hearing has been postponed until next week.", "luganda": "Okuwulirwa kw'omusango gwe kwongezeddwayo okutuusa wiiki ejja." }, { "english": "The law safeguards wives in family sharing after divorce.", "luganda": "Etteeka liwagira abakyala okugabana ebintu by'omu maka oluvannyuma lw'okwawukana." }, { "english": "He was proved innocent by the court after rape allegations.", "luganda": "Yakakasibwa kkooti obutaba na musango oluvannyuma lw'ebigambibwa nti muliisamaanyi." }, { "english": "The minister of Justice always calls upon people to respect their rights.", "luganda": "Minisita w'obwenkanya akubiriza abantu okuwa ekitiibwa eddembe lyabwe." }, { "english": "Winning a case requires a person to present undoubted evidence to the court.", "luganda": "Okuwangula omusango kyetaagisa omuntu okuwa kkooti obujjulizi obutabuusibwabuusibwa." }, { "english": "Village courts handle small cases and forward the big ones to higher authorities.", "luganda": "Kkooti z'omubyalo zikwasaganya emisango emitono ate eminene ne giweerezebwa mu kkooti ezisingako." }, { "english": "Health care in the Northern region has improved compared to previous years.", "luganda": "Ebyobulamu mu kitundu ky'obukiikakkono birongoose okusinga bwe byali emyaka egiyise." }, { "english": "Hospitals in big towns have very good reproductive health equipment for women.", "luganda": "Amalwaliro mu bibuga ebinene galina eby'okuzaalisa by'abakyala ebiri ku mutindo." }, { "english": "Many children die at birth because of poor health services.", "luganda": "Abaana abasinga bafiira mu ssannya olw'obujjanjabi obutali ku mutindo." }, { "english": "Since the baby was premature she held him close to her chest.", "luganda": "Engeri omwana gye yali tatuuse yamukwatira mu kifuba kye." }, { "english": "It stabilizes the baby's heart rate.", "luganda": "kikakkanya enkuba y'omutima gw'omwana." }, { "english": "Newborn babies cannot regulate body temperature on their own.", "luganda": "Abaana abaakazalibwa tebasobola kukola bbugumu ku lwabwe." }, { "english": "It builds a bond between the mother and the premature baby.", "luganda": "Kireetawo enkolagana wakati wa maama n'omwana atatuuse." }, { "english": "A mother should wash hands before handling a newborn baby.", "luganda": "Maama alina okunaaba mu ngalo nga tannakwata mwana yakazaalibwa.." }, { "english": "Babies born at eight months are considered premature.", "luganda": "Abaana abazalibwa ku myezi munaana batwalibwa okuba nga tebatuuse." }, { "english": "She was surprised that her eight-month baby survived death.", "luganda": "Yeewuunya nnyo ng'omwana we ow'emyezi omunaana awonye okufa." }, { "english": "The pregnant mother did not know she was carrying twins.", "luganda": "Maama w'olubuto teyamanya nti asitudde balongo." }, { "english": "She didn't get enough medical attention and one of her twin babies died.", "luganda": "Teyafuna bujjanjabi bumala era omwana omu ku balongo n'abuuka." }, { "english": "It is advisable to take a premature baby for a check-up every two weeks.", "luganda": "Kikubirizibwa okutwala omwana azaaliddwa nga tatuuse okukeberebwa buli luvannyuma lwa wiiki bbiri." }, { "english": "Keep your premature baby healthy during flu season.", "luganda": "Kuuma bulungi omwana wo azaaliddwa nga tatuuse mu biseera bya ssenyiga." }, { "english": "Are you pregnant?", "luganda": "Oli lubuto?" }, { "english": "What spreads malaria?", "luganda": "Kiki ekisaasaanya omusujja gw'ensiri?" }, { "english": "She gave birth to a baby boy.", "luganda": "Yazadde omwana mulenzi." }, { "english": "Why do women give birth to premature babies?", "luganda": "Lwaki abakyala bazaala abaana abatatuuse?" }, { "english": "How many babies are born prematurely?", "luganda": "Baana bameka abazaalibwa nga tebatuuse?" }, { "english": "We need to help women who get miscarriages.", "luganda": "Twetaaga okuyamba abakyala abavaamu embuto." }, { "english": "Women are advised to give birth in hospitals.", "luganda": "Abakyala bakubirizibwa okuzaalira mu malwaliro." }, { "english": "I have been admitted to the hospital.", "luganda": "Mpereddwa ekitanda mu ddwaliro." }, { "english": "Many people have died in that accident.", "luganda": "Abantu bangi bafiiridde mu kabenje ako." }, { "english": "Who killed the bus driver?", "luganda": "Ani yasse omugoba wa bbaasi?" }, { "english": "Where did the accident take place?", "luganda": "Akabenje kaagudde wa?" }, { "english": "A bus carries sixty passengers.", "luganda": "Bbaasi etwala abasaabaze nkaaga." }, { "english": "He was caught stealing the money.", "luganda": "Yakwatibwa abba ssente." }, { "english": "Where is the bus driver?", "luganda": "Omugoba wa bbaasi ali wa?" }, { "english": "Who burned the bus to ashes?", "luganda": "Ani yayokyezza bbaasi?" }, { "english": "I run every morning.", "luganda": "Nziruka buli kumakya." }, { "english": "Am laying on my bed.", "luganda": "Ngalamidde ku buliri bwange." }, { "english": "Are you sure he said that?", "luganda": "Okakasa ekyo kye yagambye?" }, { "english": "What is your phone number?", "luganda": "Ennamba yo ey'essimu eri ki?" }, { "english": "Where did you get those injuries from?", "luganda": "Obuvune obwo wabugye wa?" }, { "english": "Who destroyed our property?", "luganda": "Ani yayonoonye ebintu byaffe?" }, { "english": "Road users are not following traffic lights?", "luganda": "Abakozesa oluguudo tebagoberea bitaala bya ku kkubo." }, { "english": "I am going for a job interview.", "luganda": "Ngenda mu kugezesebwa kwa mulimu." }, { "english": "Am going through so much pain.", "luganda": "Mpita mu bulumi bungi." }, { "english": "Where can we get a grader that can pull this grader?", "luganda": "Tusobola kuggya wa ki weetiiye ekisobola okusika ki weetiiye kino?" }, { "english": "There is a lot of traffic in the evenings.", "luganda": "Olweggulo wabeerayo akalippagano kangi." }, { "english": "What do you spend your money on?", "luganda": "Ssente zo ozisaasaanyiza ku ki?" }, { "english": "Why do fathers neglect their responsibilities?", "luganda": "Lwaki ba taata basuddewo obuvunaanyizibwa bwabwe?" }, { "english": "What is poor parenting?", "luganda": "Enkuza y'omwana embi y'etya?" }, { "english": "What causes conflicts at home?", "luganda": "Kiki ekiviirako obukuubagano mu maka?" }, { "english": "You should work stop complaining.", "luganda": "Olina okukola lekeraawo okwemulugunya." }, { "english": "What is the number of Ugandans living below the poverty line?", "luganda": "Bannayuganda bameka abaavu ennyo?" }, { "english": "What is the importance of a father in a child's life?", "luganda": "Taata alina mugaso ki mu bulamu bw'omwana?" }, { "english": "What factors contribute to gender-based violence in communities?", "luganda": "Biki ebireetera okutulugunyizibwa olw'ekikula ky'omuntu mu bitundu?" }, { "english": "Too much alcohol is bad for your health.", "luganda": "Omwenge omungi gwa bulabe eri obulamu bwo." }, { "english": "You should confess your sins to God not Revland.", "luganda": "Olina okwejjusa ebibi byo eri katonda si eri kabona" }, { "english": "Am marrying a second wife.", "luganda": "Mpasa omukyala owokubiri." }, { "english": "What are the dangers of drug abuse?", "luganda": "Bizibu ki ebiva mu kukozesa ebiragalalagala?" }, { "english": "We need to plant more churches in the community.", "luganda": "Tulina okuzimba amakanisa amalala mu kitundu." }, { "english": "They congregated to praise and worship God.", "luganda": "Baakungaana okutendereza n'okusinza Katonda." }, { "english": "We are collecting money to build the church.", "luganda": "Tukungaanya ssente kuzimba kkanisa." }, { "english": "Are you a worship team leader?", "luganda": "Oli mukulembeze w'abatendereza?" }, { "english": "It is good to give in the house of the Lord the Bishop said.", "luganda": "Omulabirizi yagamba nti kirungi okuwaayo mu nnyumba ya mukama." }, { "english": "What are you selling?", "luganda": "Otunda ki?" }, { "english": "How much are you donating to vulnerable people?", "luganda": "Ogenda kugaba mmeka eri abantu abateesobola?" }, { "english": "You should give generously.", "luganda": "Olina okugaba ennyo." }, { "english": "We have fundraising next Sunday.", "luganda": "Tulina okusonda ku Sande ejja." }, { "english": "How are you going to fundraise money for the church roof?", "luganda": "Ogenda kusonda otya ssente z'okuteekako akasolya ku kkanisa" }, { "english": "The church is under renovation.", "luganda": "Ekkanisa eri mu kuddaabirizibwa." }, { "english": "The organizers are mismanaging the church funds.", "luganda": "Abategesi bakozesa bubi ssente z'ekkanisa." }, { "english": "Who is a missionary?", "luganda": "Omumiisani yani?" }, { "english": "We must improve the working conditions of the employees.", "luganda": "Tulina okulongoosa embeera abakozi gye bakoleramu." }, { "english": "Who is the employee of the month?", "luganda": "Mukozi ki asinze okukola obulungi omwezi guno?" }, { "english": "We have big rooms in this hotel.", "luganda": "Tulina ebisenge ebinene mu wooteeri eno." }, { "english": "How can we bridge the gap between the rich and the poor?", "luganda": "Tuyinza tutya okugyawo oluwonko wakati w'omuggaga n'omwavu?" }, { "english": "How do we fight corruption?", "luganda": "Tulwanyisa tutya obuli bw'enguzi?" }, { "english": "We need a detailed report on the coronavirus.", "luganda": "Twetaaga alipoota ennambulukufu ku kirwadde ky'akawuka ka kolona." }, { "english": "Have you submitted the course work?", "luganda": "Owaddeyo omulimu gwo?" }, { "english": "Human resource is recruiting new members to fill up the vacant positions in the company.", "luganda": "Abavunaanyizibwa ku bakozi bali mu kuwandiisa abakozi abapya abanajjuza ebifo ebikalu mu kampuni." }, { "english": "Which jobs were advertised in the newspapers?", "luganda": "Mirimu ki egyalangibwa mu mpapula z'amawulire?" }, { "english": "What is the punishment for forgery?", "luganda": "Kibonerezo ki eky'okujingirira?" }, { "english": "How do the banks show support to the local businesses?", "luganda": "Bbanka ziraga zitya obuyambi eri bizinesi eziri mu kitundu." }, { "english": "Young districts need more staff members.", "luganda": "Disitulikiti empya zeetaaga abakozi abalala." }, { "english": "How is the head of the department?", "luganda": "Omukulu w'ekitongole ali atya?" }, { "english": "Supervision is the act of supervising someone or something.", "luganda": "Okulondoola ky'ekikolwa ky'okugoberera ebikolwa oba obukozi bw'omuntu oba ekintu." }, { "english": "Muslims are celebrating Eid.", "luganda": "Abasiraamu bajjaguza yidi" }, { "english": "What was the cause of chaos between Muslims and the police?", "luganda": "Kiki ekyaleeta obutabanguko wakati w'abasiraamu ne poliisi?" }, { "english": "The police have fired teargas to disperse the Muslims.", "luganda": "Poliisi ekubye omukka ogubalagala okugumbulula abasiraamu." }, { "english": "No one is allowed in the mosque.", "luganda": "Tewali n'omu akkirizibwa mu muzikiti." }, { "english": "How did you get those injuries?", "luganda": "Wafunye otya obuvune obwo?" }, { "english": "Muslims are fighting among themselves because they have factions.", "luganda": "Abasiraamu balwanagana kubanga balimu ebiwayi." }, { "english": "Which Muslims are opposing the new Shiek?", "luganda": "Basiraamu ki abawakanya omukulembeze waabwe omupya?" }, { "english": "The mosque is closed at this time.", "luganda": "Omuzikiti gugaddwa kati." }, { "english": "Violent Muslims have been charged with inciting violence.", "luganda": "Abasiraamu abegugunga baguddwako gwakukuma muliro mu bantu." }, { "english": "Eyewitnesses blamed the police for sparking chaos.", "luganda": "Abaabaddewo baanenyeza poliisi okutandika akajagalalo." }, { "english": "The police have invaded the mosque.", "luganda": "Abapoliisi balumbye omuzikiti." }, { "english": "Muslims fast in the month of Ramadan.", "luganda": "Abasiraamu basiiba mu mwezi gw'ekisiibo." }, { "english": "The police are fighting with the Muslims.", "luganda": "Poliisi eri mu kulwanagana n'abasiraamu." }, { "english": "How can I learn the Quran?", "luganda": "Nyinza kuyiga ntya ekulaanii?" }, { "english": "What wrangles are there between Muslim leaders?", "luganda": "Nkaayana ki eziriwo wakati w'abakulembeze b'abasiraamu?" }, { "english": "Who is the leader of the Uganda Muslim supreme council?", "luganda": "Ani akulira ekitongole ky'obusiraamu ekya Uganda Muslim supreme council?" }, { "english": "Muslim headquarter is located in Kibuli.", "luganda": "Ekitebbe ky'abasiraamu ekikulu kiri Kibuli." }, { "english": "Are you a citizen of Uganda?", "luganda": "Oli munnansi wa Uganda?" }, { "english": "The university staff is professional.", "luganda": "Abakozi ba ssetendekero bakugu." }, { "english": "How many graduates have jobs so far?", "luganda": "Abattikiddwa bameka abalina emirimu kati?" }, { "english": "What is the mission of the company?", "luganda": "Kampuni eruubirirwa ki?" }, { "english": "What is your profession?", "luganda": "Wakuguka mu ki?" }, { "english": "That professor teaches physics at the university.", "luganda": "Omukenkufu asomesa somo lya physics ku Ssetendekero." }, { "english": "He applied to work at the university.", "luganda": "Yasaba okukolera ku ssetendekero." }, { "english": "How much is the university tuition?", "luganda": "Ebisale bya ssetendekero biri mu meka?" }, { "english": "Are in the bible college.", "luganda": "Bali mu ttendekero lya bayibuli" }, { "english": "What is the relationship between the University and the community?", "luganda": "Nkolagana ki eri wakati wa ssetendekero n'ekitundu?" }, { "english": "The courts are solving the land conflict between the university and the villagers.", "luganda": "Kkooti ziri mu kugonjoola nkaayana z'ettaka wakati wa ssetendekero ne bannakyalo." }, { "english": "No entry in the classroom without a mask.", "luganda": "Teri kuyingira kibiina nga tolina kakookolo." }, { "english": "Idi Amin Dada was the president of Uganda for eight years.", "luganda": "Idi Amin Dada ye yali omukulembeze wa Uganda okumala emyaka munaana." }, { "english": "How did Idi Amin come to power?", "luganda": "Idi Amin yajja atya mu bukulembeze?" }, { "english": "Is there a military hospital in the region?", "luganda": "Waliwo eddwaliro ly'abannamagye mu kitundu?" }, { "english": "Military health facilities treat security personnel.", "luganda": "Amalwaliro g'amagye gajjanjaba bakuuma ddembe." }, { "english": "What do military and veterans hospitals do?", "luganda": "Amalwaliro ga bannamagye n'abaazirwanako gakola ki?" }, { "english": "Hospitals are essential in the community.", "luganda": "Amalwaliro ga mugaso mu kitundu." }, { "english": "Constructions require money to take place.", "luganda": "Okuzimba kwetaaga ssente okukolebwa." }, { "english": "So many times we hold memories of the dead.", "luganda": "Emirundi egisinga tufuna ebirowoozo by'abaafa." }, { "english": "At what age do soldiers retire from military work?", "luganda": "Ku myaka emeka abaserikale we bawummulira okuva mu magye?" }, { "english": "You can easily contact your beloved ones via phone.", "luganda": "Osobola okwanguyizibwa okuwuliziganya n'abaagalwabo ku ssimu." }, { "english": "The more the available health centres the better the health services.", "luganda": "Gyetukoma okubeera n'amalwaliro amangiempeereza y'ebyobulamu erongooka." }, { "english": "Can a health centre be upgraded to a hospital?", "luganda": "Ekifo awajjanjabirwa kisobola okusuumusibwa okutuuka ku ddwaliro?" }, { "english": "Soldiers too need health services.", "luganda": "Abaserikale nabo beetaaga okujjanjabibwa" }, { "english": "It is okay to have a different opinion on something.", "luganda": "Si kibi okuba n'endowooza ey'enjawulo ku kintu." }, { "english": "What role is played by the ministry of defence in Uganda?", "luganda": "Minisitule y'ebyokwerinda mu Uganda erina mugaso ki?" }, { "english": "What benefit are army shops to military officers?", "luganda": "Amadduuka g'abamagye gayina mugaso ki ku bakulembeze b'amagye?" }, { "english": "The budget is beneficial in the planning process.", "luganda": "Embalirira ya mugaso mu nkola z'okuteekateeka." }, { "english": "Which countries are in the European Union?", "luganda": "Nsi ki eziri mu kibiina ekiyunga amawanga ga bulaaya?" }, { "english": "A communications officer is in charge of communication.", "luganda": "Omukungu w'eby'empuliziganya y'avunaanyizibwa ku mpuliziganya." }, { "english": "International aid is of great benefit to Ugandans.", "luganda": "Obuyambi obuva ebweru bwa mugaso eri bannayuganda." }, { "english": "How does society benefit from a local civil society organisation?", "luganda": "Ekitundu kiganyulwa kitya mu bibiina by'obwannakyewa eby'omukitundu?" }, { "english": "Both refugees and host communities receive equal services.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu n'abatuuze bafuna obuweereza bwe bumu." }, { "english": "What strategies have been laid to improve access to clean water?", "luganda": "Mpenda ki ezisaliddwa okulongoosa enfuna y'amazzi amayonjo?" }, { "english": "What are some of the water-borne diseases?", "luganda": "Ndwadde ki ezireetebwa amazzi amakyafu?" }, { "english": "Most refugees stay in temporary homes like tents.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu abasinga babera mu nnyumba ezitali za buwangaazi nga weema." }, { "english": "What are the basic needs of man?", "luganda": "Ebyetaago ebikulu eby'omuntu bye biki?" }, { "english": "Temporary shelters are not permanent.", "luganda": "Ennyumba ezitali za buwangaazi si mpangaazi." }, { "english": "Impactful projects should be permanent.", "luganda": "Pulojekiti ez'omugundu zirina okuba ez'obuwangaazi." }, { "english": "Resilience is the ability to recover from difficulties.", "luganda": "Obusobozi bw'okudda amangu mu mbeera bwe busobozi bw'okuva mu buzibu." }, { "english": "Children need education and protection.", "luganda": "Abaana beetaaga okusoma n'okukuumibwa." }, { "english": "He takes his children to the playground to play every weekend.", "luganda": "Atwala abaana be ku kisaawe okuzannya buli wiikendi." }, { "english": "Traumatised children are usually emotionally disturbed.", "luganda": "Abaana abali mu kikangabwa batawaanyizibwa nnyo mu mbeera." }, { "english": "There are very many vulnerable people in society.", "luganda": "Mu kitundu mulimu abantu bangi abateesobola." }, { "english": "Women are encouraged to reserve their dignity.", "luganda": "Abakyala bakubirizibwa okukuuma ekitiibwa kyabwe." }, { "english": "Some projects transform the lives of people.", "luganda": "Pulojekiti ezimu zikyusa obulamu bw'abantu." }, { "english": "The government annually spends a lot on landslides.", "luganda": "Gavumenti esaasaanya ssente nnyingi omwaka ku kuwumbulukuka kw'ettaka." }, { "english": "Motorcyclists are road users.", "luganda": "Abavuzi ba pikipiki bakozesa oluguudo." }, { "english": "Conflict resolution reinforces unity.", "luganda": "Okugonjoola obukuubagano kukomyawo obumu." }, { "english": "Government assets must be responsibly managed.", "luganda": "Eby'obugagga bya gavumenti birina okukwatibwa n'obwegendereza." }, { "english": "How best can we prevent motorcycle theft?", "luganda": "Tuyinza tutya okutangira obubbi bwa ppiki?" }, { "english": "Money can accumulate over time.", "luganda": "Essente zisobola okweyongera akaseera konna." }, { "english": "What do sub-county chiefs do?", "luganda": "Abakulu b'eggombolola bakola mulimu ki?" }, { "english": "Resolutions are usually for good.", "luganda": "Okusala empenda kirungi." }, { "english": "Orders must be implemented.", "luganda": "Ebiragiro birina okuteekebwa mu nkola." }, { "english": "Electorates are people entitled to vote.", "luganda": "Abeewandisiza be bantu abalina okulonda." }, { "english": "He regretted his actions at the party.", "luganda": "Yejjusa olw'enneeyisa ye ku kabaga." }, { "english": "He successfully cooperated with other leaders.", "luganda": "Yakolagana bulungi n'abakulembeze abalala." }, { "english": "A financial year lasts for a period of twelve months.", "luganda": "Omwaka gw'ebyensimbi gumala ebbanga lya myezi kkumi n'ebiri." }, { "english": "Violence among youths must stop.", "luganda": "Okusiiwuuka empisa mu bavubuka kulina okukoma." }, { "english": "Students graduate from university on completion of their courses.", "luganda": "Abayizi battikirwa okuva ku ssetendekero nga bamaze emisomo gyabwe." }, { "english": "Violence is an immoral act.", "luganda": "Obutabanguko muzze." }, { "english": "University graduates should influence the environment they live in.", "luganda": "Abattikiddwa okuva mu ssetendekero balina okukyusa ebitundu mwe babeera." }, { "english": "Let us learn to tolerate one another's character.", "luganda": "Tuyige okugumira embeera za buli muntu." }, { "english": "Qualifications are earned from education.", "luganda": "Obumanyirivu buva mu kusoma." }, { "english": "There are various optional courses for students to take at University.", "luganda": "Waaliwo emisomo egy'enjawulo abayizi gye basobola okulondako ku Ssetendekero." }, { "english": "Graduates can suitably compete in the job market.", "luganda": "Abattikiddwa basobola okuvuganya obulungi mu katale ky'ebyemirimu." }, { "english": "Most professors lecture at Universities.", "luganda": "Bapulofeesa abasinga basomesa ku zi ssettendekero." }, { "english": "The future is what lies ahead of us.", "luganda": "Ebiseera byaffe ebyomumaaso bijja." }, { "english": "The University has infrastructures like lecture halls.", "luganda": "Ssetendekero erina emizimbo nga ebisenge mwe basomera." }, { "english": "The University staff comprises lecturers.", "luganda": "Abakozi ba ssetendekero mulimu n'abasomesa." }, { "english": "He encouraged the staff to work towards achieving the organisation's objectives.", "luganda": "Yakubiriza abakozi okukola okusobola okutuukiriza ebiruubirirwa by'ekitongole." }, { "english": "Universities hold graduations every academic year.", "luganda": "Zi ssettendekero ziyimirizaawo amattikira buli mwaka gw'ebyensoma." }, { "english": "Every year the University enrols new students.", "luganda": "Buli mwaka Ssetendekero eyingiza abayizi abapya." }, { "english": "What happens during the press briefing?", "luganda": "Kiki ekibeerawo mu lukungaana lwa bannamawulire?" }, { "english": "She pursued her degree in bachelor of science in information systems.", "luganda": "Yafuna diguli ye mu bya tekinologiya." }, { "english": "Information is further studied at higher institutions of learning.", "luganda": "Eby'amawulire byongerwa okusomesebwa mu matendekero aga waggulu." }, { "english": "A few students graduated with first class in the previous academic year.", "luganda": "Mu mwaka gw'ebyensoma oguwedde abayizi batono nnyo abaatikiddwa n'eddaala erisooka." }, { "english": "Congratulations are to those that have achieved something.", "luganda": "Okwozaayozebwa kuli eri abo abafunyeewo ekintu kyonna." }, { "english": "What are some of the life skills?", "luganda": "Obukugu mu bulamu kye ki?" }, { "english": "Very many graduates lack jobs in Uganda.", "luganda": "Abattikirwa bangi tebalina mirimu mu Uganda." }, { "english": "The national council for higher education regulates institutions of higher learning.", "luganda": "Ekitongole ekitwala ebyenjigiriza ebyawaggulu mu ggwanga kye kivunaanyizibwa ku matendekero aga waggulu." }, { "english": "After your bachelor's degree you can pursue a master's degree.", "luganda": "Oluvannyuma lwa diguli yo esooka osobola okwongerako ey'okubiri." }, { "english": "How can we promote quality education?", "luganda": "Tusobola tutya okutumbula omutindo gw'ebyenjigiriza?" }, { "english": "If you perform poorly you may not be admitted at the University.", "luganda": "Bw'osoma obubi oyinza obutawandiisibwa ku ssetendekero." }, { "english": "What should one do to be globally competitive?", "luganda": "Omuntu asobola kukola ki okuvuganya ku katale k'ensi yonna?" }, { "english": "Career guidance guides students in career choices.", "luganda": "Okulungamya ku by'enjigiriza kulambika abayizi okusalawo obulungi ku kye banaabeera." }, { "english": "A lot of opportunities are available in the business.", "luganda": "Emikisa mingi egiriwo mu bizinensi." }, { "english": "Muslims follow their Islamic teaching.", "luganda": "Abasiraamu bagoberera ensomesa yabwe ey'ekisiraamu." }, { "english": "The police commonly use teargas.", "luganda": "Poliisi ekozesa nnyo omukka ogubalagala." }, { "english": "Why should the police fire live bullets in people?", "luganda": "Lwaki poliisi erina okuba amasasi mu bantu." }, { "english": "A mosque is a place of worship for the Muslims.", "luganda": "Omuzikiti kifo ky'abayisiraamu eky'okusinzizzaamu." }, { "english": "Soldiers and police officers get injured during their operations.", "luganda": "Abamagye n'abakungu ba poliisi balumizibwa mu bikwekweto bye bakola." }, { "english": "Some physical fights can lead to death.", "luganda": "Okulwanagana okumu kusobola okuleeta okufa." }, { "english": "Sheikhs are religious leaders in the Islamic faith.", "luganda": "Ba sseeka bakulembeze ba ddiini mu nzikiriza y'ekiyisiraamu." }, { "english": "Prayer time is time for God.", "luganda": "Ekiseera ky'okusaba kiseera kya Katonda." }, { "english": "Chaos usually incites violence among people.", "luganda": "Obujjagalalo buleeta obutabanguko mu bantu." }, { "english": "Can police sparkle chaos?", "luganda": "Poliisi esobola okuleetawo obujjagalalo?" }, { "english": "The army officers and police provide security.", "luganda": "Abakungu b'amagye ne poliisi bakuuma eddembe ." }, { "english": "In the Islamic faith one cannot enter the mosque with shoes on.", "luganda": "Mu nzikiriza y'ekisiraamu tosobola kuyingira muzikiti n'engatto." }, { "english": "Muslims are usually alleged to violent acts.", "luganda": "Abasiraamu bateeberezebwa bulijjo okwenyigira mu bikolwa by'obutabanguko." }, { "english": "The Quran is the holy book for Muslims.", "luganda": "Kulaani kye kitabo ekitukuvu eky'abasiraamu." }, { "english": "Why regret after doing something?", "luganda": "Lwaki wejjusa nga omaze okubaako ky'okola?" }, { "english": "The Uganda Muslim Supreme Council owns some assets.", "luganda": "Ekitebe ky'obusiraamu ekikulu ekya Uganda Muslim Supreme Council kirina eby'obuggaga." }, { "english": "Muslims greatly respect their religious leaders.", "luganda": "Abasiraamu bassa nnyo ekitiibwa mu bakulembeze baabwe." }, { "english": "What does the act of professionalism involve?", "luganda": "Ebikolwa eby'obukugu bulimu ki?" }, { "english": "We shall be going for a field tour anytime from now?", "luganda": "Tujja kuba tugenda okulambula obudde bwonna okuva kati." }, { "english": "How can one act professional?", "luganda": "Omuntu asobola kweyisa atya ng'omuyivu?" }, { "english": "What is the mission of our company?", "luganda": "Kampuni yaffe eyimiridde ku musingi ki?" }, { "english": "Morality and ethics are very important in society.", "luganda": "Obugunjufu n'empisa bya mugaso nnyo mu kitundu." }, { "english": "The public ought to realise the role of institutions in their midst.", "luganda": "Abantu basaana okumanya omugaso gw'amatendekero gye bali." }, { "english": "The University provides education services.", "luganda": "Ssetendekero awa obuweereza bw'ebyenjigiriza." }, { "english": "A lot of youths are joining the University for further studies.", "luganda": "Abavubuka bangi bayingira ssetendekero okwongerayo emisomo gyabwe." }, { "english": "What do students study in college?", "luganda": "Abayizi basoma ki mu ttendekero?" }, { "english": "The University has a good relationship with the community.", "luganda": "Ssettendekero alina enkolagana ennungi n'ekitundu." }, { "english": "The village elders can solve misunderstandings.", "luganda": "Abakadde mu byalo basobola okugonjoola obutategeeragana." }, { "english": "The village leader promised to work hand in hand with the University.", "luganda": "Omukulembeze w'ekyalo yasuubizza okukolaganira awamu ne ssettendekero." }, { "english": "Government is constructing a new referral hospital in the district.", "luganda": "Gavumenti eri mu Kuzimba eddwaliro epya awasindikibwa abayi mu disitulikiti." }, { "english": "The hospital will be giving health services to all the people in the community.", "luganda": "Eddwaliro lijja kuba liwa abantu bonna obujjanjabi mu kitundu." }, { "english": "All veterans are entitled to access health care.", "luganda": "Abaazirwanako bonna baweebwa omukisa gwokufuna obujjanjabi." }, { "english": "It is the biggest hospital in the whole region with all the health facilities.", "luganda": "Ly'eddwaliro erisinga obunene mu kitundu kyonna n'ebyobujjanjabi byonna ." }, { "english": "The hospital will give free health services to retired soldiers.", "luganda": "Eddwaliro lijja kuwa abaserikale abawummula eby'obujjanjabi ku bwereere." }, { "english": "The Mayor has donated fifty bags of cement for the construction of the hospital.", "luganda": "Akuulira ekibuga awaddeyo ensawo za seminti ataano ziyambeko mu kuzimba eddwaliro ." }, { "english": "The ministry of defence will provide all health supplies and equipment to the hospital.", "luganda": "Minisitule y'ebyokwerinda ejja kuwa eddwaliro ebikozesebwa mu kujjanjaba n'ebyobulamu." }, { "english": "The hospital will be built in remembrance of the fallen president of Uganda.", "luganda": "Eddwaliro lijja kuzimbibwa nga ekijjukizo ky'eyaliko omukulembeze wa Uganda." }, { "english": "There is a hardware shop in town selling hardware materials at a lower price.", "luganda": "Waliwo edduuka ly'ebizimbisibwa mu kibuga eritunda ebizimbisibwa ku bbeeyi eyawansi." }, { "english": "The hospital will benefit the entire community.", "luganda": "Eddwaliro lijja kugasa kitundu kyonna." }, { "english": "The military hospital will reduce the overcrowding of patients in health centres.", "luganda": "Eddwaliro ly'amagye lijja kukendeeza omujjuzo gw'abalwadde mu bifo awajjanjabirwa." }, { "english": "It is better to improve medical equipment in existing health centres.", "luganda": "Kirungi okwongera ku mutindo gw'ebijjanjabisa mu bifo ebiriwo awajjanjabirwa." }, { "english": "Some hospitals display patients' names next to the doors of the rooms they occupy.", "luganda": "Amalwaliro agamu gatimba amannya g'abalwadde ku nzigi z'ebisenge mwe bali." }, { "english": "The ministry of defence is in the process of building a national military hospital.", "luganda": "Minisitule y'ebyokwerinda eri mu ntegeka ya kuzimba ddwaliro ly'amagye ery'eggwanga." }, { "english": "Hospital name shouldn't be an issue to debate about.", "luganda": "Erinnya ly'eddwaliro teryandibadde nsonga yakukubaganyizaako birowoozo." }, { "english": "The region has only one existing army shop.", "luganda": "Ekitundu kirina edduuka ly'amagye limu eririwo." }, { "english": "The money budgeted is not enough to open up another army shop.", "luganda": "Ssente ezaabaliriddwa tezimala kuggulawo dduuka ly'amagye ddala." }, { "english": "The partnership with international investors to help refugees has ended.", "luganda": "Enkolagana ne bamusiga nsimbi ab'ensi yonna okuyamba abanoonyiboobubudamu ekomye." }, { "english": "It was announced on Friday last week.", "luganda": "Kyalangirirwa olwokutaano lwa wiiki ewedde." }, { "english": "The community benefited from this organization.", "luganda": "Ekitundu kyaganyulwa mu kitongole kino." }, { "english": "These organizations help in caring for child development in the refugee camps.", "luganda": "Ebitongole bino biyamba okulabirira enkula y'omwana mu nkaambi z'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "Communities hosting refugees have benefited from these organizations.", "luganda": "Ebitundu ebibudamya abanoonyiboobubudamu biganyuddwa mu bitongole bino." }, { "english": "Twenty boreholes were constructed in the region.", "luganda": "Nnayikondo abiri zaazimbibwa mu kitundu." }, { "english": "They helped in the improvement of sanitation in refugee camps.", "luganda": "Bayambako mu kulongoosa omutindo gw'obuyonjo mu nkambi z'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "Good sanitation prevents diseases.", "luganda": "Obuyonjo butangira endwadde ." }, { "english": "The money came in at a time when they needed it.", "luganda": "Ssente zajjira mu kaseera mwe baali bazaagalira ." }, { "english": "They collect water from iron sheets during the rainy seasons.", "luganda": "Balembeka amazzi okuva ku mabaati mu biseera by'enkuba." }, { "english": "Women and girls are always advised to move in groups to avoid abuse.", "luganda": "Abakyala n'abawala bakubirizibwa okutambulira mu bibiinja okwewala okutyobolebwa." }, { "english": "Refugees need to settle in their new homes.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu beetaaga okubeera mu maka gaabwe amagya." }, { "english": "The programs help children to learn develop and receive education from childhood.", "luganda": "Pulogulaamu ziyamba abaana okuyiga okukula n'okusoma okuva mu buto." }, { "english": "These organizations protect children's rights to receive an education.", "luganda": "Ebitongole bino bikuuma eddembe ly'abaana okusobola okusoma." }, { "english": "Parents are advised to make their children feel safe.", "luganda": "Abazadde bakubirizibwa okukuuma abaana baabwe." }, { "english": "People with disabilities need specialized services.", "luganda": "Abantu abalina obulemu beetaaga obuweereza obw'enjawulo." }, { "english": "They promote women empowerment.", "luganda": "Bawagira okutumbula abakyala." }, { "english": "People need electricity in their homes.", "luganda": "Abantu beetaaga amasannyalaze mu maka gaabwe." }, { "english": "The government needs more funds to facilitate the refugees.", "luganda": "Gavumenti yeetaaga ssente endala okubeezaawo abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "The man who stole the motorcycle was handed over to the police.", "luganda": "Omusajja eyabba ppikipiki yakwasibwa poliisi." }, { "english": "There is a disagreement between the leaders.", "luganda": "Waliwo obutakkaanya mu bakulembeza." }, { "english": "Government vehicles are for official use only.", "luganda": "Emmotoka za gavumenti zikola mirimu mitongole gyokka." }, { "english": "The motorcycle was stolen when he was deep asleep.", "luganda": "Ppikipiki yabbibwa nga yeebase nnyo." }, { "english": "They will be deducting their salary every month as a payment plan.", "luganda": "Bajja kuba basala ku musaala gwabwe buli mwezi ng'enteekateeka y'okusasula." }, { "english": "The two are government employees.", "luganda": "Ababiri bakozi ba gavumenti." }, { "english": "The district leader failed to act by their wish.", "luganda": "Omukulembeze wa disitulikiti teyakolera ku kwagala kwabwe." }, { "english": "Some of the councillors are happy about the decision made.", "luganda": "Ba kansala abamu basanyufu ku lw'okusalawo okwakoleddwa." }, { "english": "School inspectors use motorcycles to supervise schools.", "luganda": "Abakebera omutindo gw'amasomero bakozesa ppikipiki okugalondoola." }, { "english": "Thugs sell motorcycles to spare parts shops.", "luganda": "Bakyalakimpadde batunda ppikipiki mu madduuka agatunda ebyuma bya ppikipiki." }, { "english": "He promised to fulfil the pledge he made.", "luganda": "Yasuubizza okutuukiriza okweyama kwe." }, { "english": "Security guards are responsible for the security of the office.", "luganda": "Abakuumi bavunaanyizibwa okukuuma yafesi." }, { "english": "There is an increase in violence among the youth.", "luganda": "Obutabanguko mu bavubuka bweyongedde ." }, { "english": "The minister read the speech at the graduation ceremony.", "luganda": "Minisita yasoma obubaka ku mukolo gw'amattikira." }, { "english": "Violence against women should not be tolerated.", "luganda": "Okutulugunya abakyala tekulina kugumiikirizibwa." }, { "english": "His bad performance resulted from the gangs he joined at the University.", "luganda": "Ensoma ye embi yava ku kibiinja kye yeegattako ku ssettendekero." }, { "english": "We should love and respect each other.", "luganda": "Tulina okwagalaggana n'okuwangana ekitiibwa." }, { "english": "The University is open to all students around the world.", "luganda": "Ssetendekero eyaniriza buli muyizi mu nsi yonna." }, { "english": "Performance of male students was better than female students.", "luganda": "Ensoma y'abayizi abalenzi yasinga ey'abawala." }, { "english": "Our father encouraged us during hard work.", "luganda": "Taata waffe yatukubiriza mu kaseera k'okukola." }, { "english": "He has encouraged students to enrol for science degree programs.", "luganda": "Akubirizza abayizi okwewandiisa mu kusoma ddiguli mu by'ekinnasayansi." }, { "english": "Creativity is a skill that employers need desperately.", "luganda": "Obuyiiya buba bukugu abakozesa bwe beetaaga ennyo." }, { "english": "A school should be set up in a suitable atmosphere.", "luganda": "Essomero lirina okuzimbibwa mu kifo eky'embeera ennungi." }, { "english": "Does teacher absenteeism affect the student's performance?", "luganda": "Obutabeerawo bw'omusomesa bukosa ensoma y'omuyizi?" }, { "english": "The University needs more funding.", "luganda": "Ssettendekero yetaaga ssente endala." }, { "english": "The graduation ceremony is scheduled Tuesday eighteenth November this year.", "luganda": "Omukolo gw'amattikira guliyo lwakubiri nga kkumi na munaana omwezi gwa museenene omwaka guno." }, { "english": "The University is to pass out over fifty graduates.", "luganda": "Ssettendekero yakuttikira abayizi abasoba mu ataano." }, { "english": "The first lady of Uganda will be the guest of honour.", "luganda": "Omukyala w'omukulembeze wa Uganda yajja okuba omugenyi omukulu." }, { "english": "Fifty students are graduating today.", "luganda": "Abayizi ataano be battikirwa leero." }, { "english": "Eight female students are graduating today.", "luganda": "Abayizi abawala munaana be bagenda okuttikirwa leero." }, { "english": "The students are graduating with first-class degrees.", "luganda": "Abayizi abattikkirwa bayitidde mu ddaala erisooka." }, { "english": "Female students excelled in their studies.", "luganda": "Abayizi abawala baayise bulungi emisomo gyabwe." }, { "english": "He should find ways of thinking and solving problems.", "luganda": "Alina okuzuula engeri y'okulowooza n'okugonjoola ebizibu." }, { "english": "Graduates should become job creators not job seekers.", "luganda": "Abattikiddwa balina okuba abayiiya b'emirimu so si banoonyi b'emirimu." }, { "english": "They have introduced new courses this year.", "luganda": "Banjudde amasomo amapya omwaka guno." }, { "english": "The university will introduce more new courses in the future.", "luganda": "Ssettendekero ajja kwanjula amasomo amalala amapya gye bujja." }, { "english": "Education helps to keep society stable.", "luganda": "Okusoma kuyamba okutebenkeza ekitundu." }, { "english": "Good grades can get you into the University.", "luganda": "Obubonero obulungi busobola okuyingiza mu ssetendekero." }, { "english": "Children are motivated to work hard.", "luganda": "Abaana basikirizibwa okukola ennyo." }, { "english": "Some University students change courses in the first semester.", "luganda": "Abayizi ba ssettendekero abamu bakyusa amasomo gaabwe mu lusoma olusooka." }, { "english": "Restaurants make a lot of money from University students.", "luganda": "Ebirabo by'emmere bikola ensimbi nnyingi okuva mu bayizi ba ssettendekero.." }, { "english": "Uganda beat South Sudan in the African qualification game this week.", "luganda": "Uganda yakubye Sudan y'omu maserengeta mu muzannyo gw'empaka za Africa wiiki eno." }, { "english": "Dennis Masinde Onyango is the goalkeeper and captain of the national football team.", "luganda": "Dennis Masindi Onyango ye mukwasi wa ggoolo era kaputeni wa ttiimu y'omupiira ey'eggwanga." }, { "english": "Our village football team reached the finals in last year's Christmas cup.", "luganda": "Ttiimu yaffe ey'omupiira gw'ebigere yatuuka ku kamalirizo k'ekikopo ky'amazaalibwa ag'omwaka oguwedde." }, { "english": "A team gets three points for every win in the national football league.", "luganda": "Ttiimu efuna obubonero busatu ku buli luwangula mu liigi y'omupiira ey'eggwanga." }, { "english": "Halid Lwaliwa scored the winning goal for Uganda against Southern Sudan this Thursday.", "luganda": "Halid Lwaliwa yateebedde Uganda ggoolo ey'obuwanguzi nga bazanya ne Sudan ey'omu maserengeta olwokuna luno." }, { "english": "Uganda will face Rwanda for the African cup qualification game early next year.", "luganda": "Uganda egenda kwambalagana ne Rwanda ku ntandikwa y'omwaka ogujja mu gy'okusunsulamu abaneetaba mu kikopo kya African cup." }, { "english": "The minister postponed the national schools' football games until next year.", "luganda": "Minisita yayongezaayo empaka z'okusamba omupiira gw'amasomero mu ggwanga okutuusa omwaka ogujja ." }, { "english": "Uganda has many football academics that help to develop talent.", "luganda": "Uganda erina eby'ensoma by'emipiira bingi ebisobola okuyamba okulaakulanya ebitone." }, { "english": "An injury affects a player's performance in a football game.", "luganda": "Obuvune bukosa enzannya y'omusambi mu kuzannya omupiira." }, { "english": "An injury can end a player's football career.", "luganda": "Obuvune busobola okukomya omulimu gw'omusambi w'omupiira." }, { "english": "Fans are not allowed to watch games in the stadium due to the pandemic.", "luganda": "Abawagizi tebakirizibwa kulabira mupiira mu kisaawe olw'ekirwadde bbunansi eky'akawuka ka kolona." }, { "english": "A certain team was suspended from the national league for bribing a referee.", "luganda": "Ekibiinja ekimu kyawumuziddwa okuva mu liigi y'eggwanga olwokugulirira omusazi w'empaka." }, { "english": "The media council has awarded the best sports journalist of the year.", "luganda": "Akakiiko k'ebyempuliziganya kawadde munnamawulire w'emizannyo asinze omwaka guno ekirabo." }, { "english": "Higher institutes of learning take part in sports games annually.", "luganda": "Amatendekero g'ebyensoma aga waggulu geenyigira mu byemizannyo buli mwaka." }, { "english": "Some football clubs in the country lack standard playgrounds for hosting games.", "luganda": "Kiraabu z'omupiira ezimu mu ggwanga tezirina bisaawe bituukana n'omutindo ogukkirizibwa okuzannyiramu akapiira" }, { "english": "Clubs signed new players to improve on the weak areas come next season.", "luganda": "Kiraabu zawandiise abazannyi abapya okulongoosa ewanafu mu luzannya olujja." }, { "english": "It is very rare for church leaders to be attacked by criminals.", "luganda": "Kizibu nnyo abakulembeze b'ekkanisa okulumbibwa abazzi b'emisango." }, { "english": "The bishop requested the police inspector to deploy more officers in the area.", "luganda": "Omulabirizi yasabye atwala poliisi okwongera abaserikale mu kitundu." }, { "english": "Some religious leaders mislead people these days.", "luganda": "Abakulembeze b'amaddiini abamu bawabya abantu ennaku zino." }, { "english": "There are many religious leaders in our country.", "luganda": "Mu ggwanga lyaffe mulimu abakulembeze b'amaddiini bangi." }, { "english": "Some church leaders were sent to court.", "luganda": "Abakulembeze b'ekkanisa abamu baasindikibwa mu kkooti." }, { "english": "The meeting was cancelled.", "luganda": "Olukiiko lwasaziddwamu." }, { "english": "They did not want to cancel the meeting.", "luganda": "Baabadde tebaagala kusazaamu lukiiko." }, { "english": "We do not know why the meeting was cancelled.", "luganda": "Tetumanyi lwaki olukiiko lwasaziddwamu." }, { "english": "They did not lose any match.", "luganda": "Tebaawanguddwa mu luzannya lwonna." }, { "english": "The church deployed more security officers.", "luganda": "Ekkanisa yayungudde abakuuma ddembe abalala." }, { "english": "The chairman cancelled the meeting.", "luganda": "Ssentebe yasazizaamu olukiiko." }, { "english": "The issue has not been resolved yet.", "luganda": "Ensonga tennagonjoolwa." }, { "english": "The judge has not given his judgement yet.", "luganda": "Omulamuzi tannawa nsala ye." }, { "english": "They were advised to reconcile.", "luganda": "Baakubiriziddwa okusonyiwagana." }, { "english": "They failed to resolve the dispute.", "luganda": "Baalemeddwa okugonjoola obuttakaanya." }, { "english": "They were told to harmonize.", "luganda": "Baagambiddwa okukkiriziganya." }, { "english": "The dispute was not resolved.", "luganda": "Obuttakaanya tebwagonjoolwa." }, { "english": "He was not informed about the cancellation of the meeting.", "luganda": "Teyategeezebwa ku kusazibwamu kw'olukiiko." }, { "english": "The Bishop had been invited to celebrate mass.", "luganda": "Omulabirizi yabadde ayitiddwa mu kusoma mmisa." }, { "english": "Priests should be respectful.", "luganda": "Ba kabona balina okuweebwa ekitiibwa." }, { "english": "He was found guilty of defamation.", "luganda": "Yasingisiddwa omusango gw'okwonoona erinnya ly'omulala." }, { "english": "He reported the thieves to the police.", "luganda": "Yawaabidde ababbi ku poliisi." }, { "english": "The parish priest was welcomed.", "luganda": "Kabona w'omuluka ya yaniriziddwa." }, { "english": "This is a praise and worship moment.", "luganda": "Kino kiseera kya kusinza na kutendereza." }, { "english": "The players celebrated having won the football match.", "luganda": "Abazannyi baajaguza olw'okuwangula okusamba omupiira." }, { "english": "They lost a football match.", "luganda": "Baabawangudde mu mupiira." }, { "english": "They won the trophy on the sports day.", "luganda": "Baawangula ekikopo ku lunaku lw'ebyemizannyo." }, { "english": "They did not lose any football match.", "luganda": "Tebaawangulwa mu mupiira gwonna." }, { "english": "The football team was unhappy.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira teyali nsanyufu." }, { "english": "The team played so well.", "luganda": "Ttiimu yazannya bulungi." }, { "english": "They have never lost any match.", "luganda": "Tebawangulwangako mu luzannya lwonna." }, { "english": "The players need to practice more often before any match.", "luganda": "Abazannyi beetaaga okwegezaamu buli kiseera nga tebannatandika luzannya lwonna." }, { "english": "We got a new football coach.", "luganda": "Twafuna omutendesi w'omupiira omupya." }, { "english": "The new team members were welcomed.", "luganda": "Abazannyi ba ttiimu abapya baayanirizibwa." }, { "english": "We do not know the winner of the match.", "luganda": "Tetumanyi muwanguzi waluzannya." }, { "english": "We have a new goalkeeper.", "luganda": "Tulina omukwasi w'omupiira omupya." }, { "english": "A lot of money was allocated to building schools.", "luganda": "Ssente nnyingi zaateekebwa ku kuzimba masomero." }, { "english": "The budgeting process commenced.", "luganda": "Enkola y'okubalirira yatandika." }, { "english": "It was a national conference.", "luganda": "Lwali lukungaana lwa ggwanga.." }, { "english": "Many people have resorted to farming.", "luganda": "Abantu bangi bazze mu kulima." }, { "english": "More tour guides were recruited.", "luganda": "Abalambuza abalala baayingizibwa." }, { "english": "More schools are going to be built.", "luganda": "Amasomero amalala gagenda kuzimbibwa." }, { "english": "They recruited more workers.", "luganda": "Baayingiza abakozi abalala." }, { "english": "There are several broken marriages in Uganda.", "luganda": "Mu Uganda mulimu obufumbo obw'enjawulo obutabanguse." }, { "english": "Rural areas need more doctors.", "luganda": "Ebyalo byetaaga abasawo abalala." }, { "english": "The budget was read during the conference.", "luganda": "Embalirira yasomebwa mu kaseera k'olukungaana." }, { "english": "Many people turned up at the conference.", "luganda": "Abantu bangi bajjumbira olukungaana." }, { "english": "I do not know the chairman's name.", "luganda": "Simanyi linnya lya ssentebe." }, { "english": "The pupils performed poorly.", "luganda": "Abayizi baakolera ddala bubi." }, { "english": "A new pit latrine was constructed.", "luganda": "Kaabuyonjo empya yazimbibwa." }, { "english": "The chairman introduces himself.", "luganda": "Ssentebe yeeyanjula." }, { "english": "I was told about her challenges.", "luganda": "Nagambibwa ku bimusoomooza." }, { "english": "We do not know who the beneficiaries are.", "luganda": "Tetumanyi baani baganyulwamu." }, { "english": "People should avoid drinking alcohol.", "luganda": "Abantu balina okwewala okunywa omwenge." }, { "english": "The education officer welcomed the students back to school.", "luganda": "Omukungu w'ebyenjigiriza yayanirizza abaana okudda ku ssomero." }, { "english": "The disabled should be considered while making development plans.", "luganda": "Abalina obulemu balina okufiibwako mu kukola enteekateeka z'enkulaakulana." }, { "english": "The results of the match are still unknown.", "luganda": "Ebyavudde mu luzannya na kati tebinnamanyika." }, { "english": "We have a football match today.", "luganda": "Tugenda okusamba omupiira leero." }, { "english": "The sports gala will be held in Gulu.", "luganda": "Empaka z'ebyemizannyo zijja kubeera Gulu." }, { "english": "They lost the match.", "luganda": "Baawanguddwa." }, { "english": "They expected to win the match.", "luganda": "Baasuubira okuwangula oluzannya." }, { "english": "They did not expect to lose the match.", "luganda": "Tebasuubira kuwangulwa mu luzannya." }, { "english": "The next match is tomorrow.", "luganda": "Oluzannya oluddako lwa nkya." }, { "english": "The referee was unfair.", "luganda": "Omusazi w'empaka teyali mwenkanya." }, { "english": "They scored during the penalty.", "luganda": "Baateeba mu kaseera ka penati." }, { "english": "The team was disorganized throughout the match.", "luganda": "Ttiimu yali teyeteeseteese mu luzannya lwonna." }, { "english": "They were very happy to win the match.", "luganda": "Baali basanyufu okuwangula oluzannya." }, { "english": "They did not score any goal.", "luganda": "Tebaateeba ggoolo yonna." }, { "english": "They qualified for the finals of the league.", "luganda": "Baayitamu okutuuka ku mpaka z'akamalirizo eza liigi.." }, { "english": "One of the players got injured during the match.", "luganda": "Omuzannyi omu yakosebwa mu luzannya." }, { "english": "He is the striker of the school team.", "luganda": "Oyo ye mutebi wa ttiimu y'esomero." }, { "english": "We are encouraged to educate our children.", "luganda": "Tukubirizibwa okusomesa abaana baffe." }, { "english": "Many parents paid school fees for their children.", "luganda": "Abazadde bangi baasasulira abaana baabwe ebisale by'essomero." }, { "english": "Free education has been availed.", "luganda": "Okusoma okwobwereere kuleeteddwa." }, { "english": "The population of Uganda is rapidly growing.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu mu Uganda gukula mangu." }, { "english": "Northern Uganda has changed a lot since Uganda got Independence.", "luganda": "Obukiikakkono bwa Uganda bukyuse nnyo okuva Uganda lwe yafuna obwetwaze." }, { "english": "It rained today morning.", "luganda": "Leero kumakya yatonnye." }, { "english": "Her son dropped out of school.", "luganda": "Mutabani we yava mu ssomero." }, { "english": "They requested to be given a second chance.", "luganda": "Baasaba okuweebwa omukisa omulala." }, { "english": "New workers have been recruited.", "luganda": "Abakozi abapya bayingiziddwa." }, { "english": "They called for project proposals.", "luganda": "Bayita ebiteeso bya pulojekiti." }, { "english": "There is an age limit on people who should contest for leadership positions.", "luganda": "Waliwo ekkomo ly'emyaka ku bantu abalina okwesimbawo ku bifo by'obukulembeze.." }, { "english": "The army training was completed.", "luganda": "Okutendekebwa kw'amagye kaggwa." }, { "english": "The president urged the youth to join the army.", "luganda": "Omukulembeze w'eggwanga yasaba abavubuka okuyingira amagye." }, { "english": "They shot someone dead.", "luganda": "Baakuba omuntu amasasi n'afa.." }, { "english": "There are many police officers in Kampala.", "luganda": "Waliyo abakungu ba poliisi bangi mu Kampala." }, { "english": "Independence day celebrations were cancelled.", "luganda": "Okujaguza kw'amefuga kwasazibwamu." }, { "english": "They did not vote.", "luganda": "Tebaalonda." }, { "english": "He promised to sue the chairman.", "luganda": "Yasuubizza okuwaabira ssentebe." }, { "english": "The chairman had rigged votes.", "luganda": "Ssentebe yali abbye obululu." }, { "english": "People were very violent.", "luganda": "Abantu baali batabuse." }, { "english": "The protest was due to high taxes.", "luganda": "Okwekalakaasa kwava ku misolo egiri waggulu." }, { "english": "Teachers gave their students company during the trip.", "luganda": "Abasomesa bawerekerako abayizi baabwe mu kulambula." }, { "english": "The sports day was postponed.", "luganda": "Olunaku lw'ebyemizannyo lwayongezebwayo." }, { "english": "They deployed security personnel in preparation for the party.", "luganda": "Baayiye abakuuma ddembe mu kutegeka akabaga." }, { "english": "The market is no longer operational.", "luganda": "Akatale tekakyakola." }, { "english": "Their boss appreciated the workers.", "luganda": "Mukama waabwe yasiima abakozi." }, { "english": "He visited Uganda for the first time.", "luganda": "Yakyalira Uganda omulundi gwe ogusooka." }, { "english": "Many markets have been constructed.", "luganda": "Obutale bungi buzimbiddwa." }, { "english": "That is the biggest market in Uganda.", "luganda": "Ako ke katale akasinga obunene mu Uganda." }, { "english": "The government is greatly indebted.", "luganda": "Gavumenti ebaangibwa nnyo." }, { "english": "The market has not had electricity for three days.", "luganda": "Akatale tekabadde na masannyalaze okumala ennaku ssatu." }, { "english": "They resorted to using solar energy.", "luganda": "Baasalawo kukozesa amaanyi g'enjuba." }, { "english": "There is tight security at the market.", "luganda": "Ku katale waliwo obukuumi bw'amaanyi." }, { "english": "The newly elected Kadhi will unite the Muslims in Arua.", "luganda": "Kadhi omupya eyalondeddwa ajja kugatta abasiraamu abali mu Arua ." }, { "english": "Religion is for peace.", "luganda": "Eddiini ya ddembe." }, { "english": "Religion teaches us how to behave in society.", "luganda": "Eddiini etuyigiriza engeri y'okweyisaamu mu kitundu." }, { "english": "The outgoing Kadhi was absent at the handover ceremony.", "luganda": "Kadhi omukadde teyaliiwo ku mukolo gw'okuwaayo obukulembeze." }, { "english": "The outgoing Kadhi did not want to hand over the office.", "luganda": "Kadhi omukadde yali tayagala kuwaayo yafesi." }, { "english": "The police were present to maintain law and order.", "luganda": "Poliisi yaliwo okukwasisa amateeka n'obutebenkevu." }, { "english": "Moslems are excited and hopeful about the new leadership.", "luganda": "Abasiraamu basanyufu era balina essuubi olw'obukulembeze obupya." }, { "english": "The newly elected Kadhi speaks both English and Arabic.", "luganda": "Kadhi omupya eyalondeddwa ayogera Olungereza n'Oluwalabu." }, { "english": "Moslems believe that God chose the new Kadhi.", "luganda": "Abasiraamu bakkiriza nti Katonda ye yalonda Kadhi omupya." }, { "english": "The Muslims gave their full support to the newly elected Kadhi.", "luganda": "Abasiraamu bawa obuwagizi bwabwe bwonna eri kadhi omupya eyalondebwa." }, { "english": "The Islamic University in Uganda will be a training centre for the Muslim leaders.", "luganda": "Ssetendekero w'abasiraamu mu Uganda ajja kuba ttendekero ly'abakulembeze abasiraamu." }, { "english": "Muslims should not involve security agencies when they are solving their problems.", "luganda": "Abasiraamu tebalina kuyingizaamu babyakwerinda nga bagonjoola ebizibu byabwe." }, { "english": "The resident district commissioner was transferred to Kiryandongo.", "luganda": "Akiikirira omukulembeze w'eggwanga mu disitulikiti yatwalibwa Kiryandongo." }, { "english": "The date for installing the new Kadhi is not yet clear.", "luganda": "Olunaku olw'okulayiza Kadhi omupya terunnategeerekeka." }, { "english": "The Arua Muslim district comprises the district of Arua and Maracha.", "luganda": "Disitulikiti y'Abasiraamu ey'Arua ezingiramu disitulikiti ye Arua ne Maracha." }, { "english": "Headteachers in refugee-hosting communities were equipped with management skills.", "luganda": "Abakulembeze b'amasomero mu byalo ebyasenza abanoonyiboobubudamu baweebwa obukugu mu bukulembeze." }, { "english": "The three hundred teachers received sponsorships from the government.", "luganda": "Abasomesa bisatu baafuna obuyambi okuva mu gavumenti." }, { "english": "The training involves headteachers teachers and parents.", "luganda": "Omusomo gulimu abakulembeze b'amasomero abasomesa n'abazadde." }, { "english": "The training instilled elements of patriotism in teachers and also brought pupils together.", "luganda": "Omusomo gwanyikiza obwagazi bw'eggwanga eri abasomesa ne guleeta n'obumu mu bayizi." }, { "english": "Headteachers acquired financial management skills.", "luganda": "Abakulembeze b'amasomero baafuna obukugu mu kukwasaganya ebyensimbi." }, { "english": "Teachers should work together and implement plans for the development of schools.", "luganda": "Abasomesa balina okukolera awamu okuteeka mu nkola enteekateeka y'okukulaakulanya amasomero." }, { "english": "The school directors should not get involved in the management of school funds.", "luganda": "Ba nnanyini masomero tebateekeddwa kwenyigira mu ku kwasaganya ensimbi z'amasomero." }, { "english": "People should follow legal procedures when handling conflicts.", "luganda": "Abantu balina okugoberera amateeka nga bagonjoola obukuubagano.." }, { "english": "Handouts will be given to participants so that they can have a future reference.", "luganda": "Empapula eziriko omulimu zijja kuweebwa abenyigiddemu basobole okufuna kwe basinziirira ku by'omu maaso." }, { "english": "One hundred twenty-four people were trained.", "luganda": "Abantu kikumi abiri mu bana be baatendekebwa." }, { "english": "There are conflicts between the teachers parents and the headteachers.", "luganda": "Waliwo obukuubagano wakati w'abasomesa abazadde n'abakulembeze b'amasomero." }, { "english": "Some plants grow without human intervention.", "luganda": "Ebimera ebimu bikula awatali kuyambibwa kwa muntu." }, { "english": "Onduparaka lost to Kampala capital city authority by two goals to nothing.", "luganda": "Onduparaka yakubwa Kampala Capital city authority ggoolo bbiri ku bwereere." }, { "english": "Kampala capital city authority football club got their first away win this season.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira eya Kampala Capital city authority yafuna okuwangula kwayo okwasooka sizoni eno." }, { "english": "Kampala capital city authority football club scored from set-pieces.", "luganda": "Ttiimu ya Kampala capital city authority yateebera mu kusimula kw'ekisobyo." }, { "english": "Onduparaka football club has a poor defence.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira eya Onduparaka erina ekisenge ekizibizi ekinafu." }, { "english": "Kampala capital city authority was the better team on the day.", "luganda": "Ttiimu ya Kampala capital city authority ye yali esinga ku lunaku olwo." }, { "english": "Onduparaka wasted many goal scoring opportunities.", "luganda": "Ttiimu ya Onduparaka yafiirwa emikisa gy'okuteeba mingi." }, { "english": "Onduparaka football club lost their first game of the season.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira eya Onduparaka yafiirwa omuzannyo gwayo ogwasooka mu luzannya." }, { "english": "Onduparaka had not conceded a single goal until they faced Kampala Capital City Authority.", "luganda": "Onduparaka yali tekubwangamu ggoolo n'emu okutuusa lwe baakwatagana ne Kampala Capital city Authority." }, { "english": "Onduparaka played without their captain.", "luganda": "Onduparaka baazannye nga tebalina kapiteeni." }, { "english": "Kampala capital city authority was motivated to win the game.", "luganda": "Kamapala Capital City Authority yaddizibwamu amaanyi okuwangula omuzannyo." }, { "english": "Kampala capital city authority football players get so many yellow cards.", "luganda": "Abazannyi b'omupiira aba Kampala Capital City Authority bafuna kaadi eza kyenvu nnyingi." }, { "english": "There is competition among the Kampala capital city players.", "luganda": "Waliwo okuvuganya wakati w'abazannyi ba Kampala Capital City Authority." }, { "english": "Some players for Onduparaka had their debut matches.", "luganda": "Abazannyi ba Onduparaka abamu baafuna oluzannya lwabwe olusooka." }, { "english": "The government installed a pico power project in Arua district.", "luganda": "Gavumenti yateekayo pulojekiti y'amasannyalaze ga pico mu disitulikiti y'e Arua." }, { "english": "The project provides people with a clean source of power.", "luganda": "Pulojekiti ewa abantu ensibuko y'amasannyalaze." }, { "english": "This power project was the first of its kind in West Nile.", "luganda": "Pulojekiti y'amasanyalze ey'ekikula kino ye yasookera ddala mu West Nile." }, { "english": "The government will install different power projects across the country.", "luganda": "Gavumenti ejja kuteeka pulojekiti z'amasannyalaze ez'enjawulo mu ggwanga lyonna." }, { "english": "The government aims at establishing a reliable power supply across Uganda.", "luganda": "Gavumenti eruubirirwa okuteekawo amasannyalaze agesigika mu ggwanga lyonna." }, { "english": "The pico project generates small amounts of power.", "luganda": "Pulojekiti ya pico efulumya amasannyalaze matono." }, { "english": "The project has provided employment opportunities for the people of Arua.", "luganda": "Pulojekiti ewadde abantu be Arua emirimu." }, { "english": "Some residents provided land on which the project will be established.", "luganda": "Abatuuze abamu baawaayo ettaka pulojekiti kweneetambulizibwa." }, { "english": "The power station was not set up on falls because they rely on rainwater.", "luganda": "Ekkolero ly'amasannyalaze telyateebwa ku kiyiriro kubanga beesigama ku mazzi ga nkuba." }, { "english": "The technicians inspected Okabi stream for the establishment of the power project.", "luganda": "Abakugu baalambula omugga gwa Okabi okusobola okuteekawo pulojekiti y'amasannyalaze." }, { "english": "The stream had consistent waters which were even used for irrigation purposes.", "luganda": "Omugga gwalina amazzi lubeerera agaakozesebwa ne mu kufukirira ebirime." }, { "english": "The stream could be able to generate electric power for the whole village.", "luganda": "Omugga gwali gusobola okukola amasannyalaze agabuna ekyalo kyonna." }, { "english": "The technicians proposed an installation of a power generation centre on the stream.", "luganda": "Abakugu baateesa okuteekawo ekkolero ly'amasannyalaze ku mugga guno." }, { "english": "Local people mobilised local resources for the project.", "luganda": "Abatuuze baakungaanya ebinaakozesebwa ku pulojekiti." }, { "english": "People paid five thousand shillings for energy-saving bulbs.", "luganda": "Abantu baasasula enkumi ttaano ez'okugula amataala agakekereza amasannyalaze." }, { "english": "People were excited about acquiring electric power.", "luganda": "Abantu baasanyuka olw'okufuna amasannyalaze." }, { "english": "People are living in grass-thatched houses with electric power.", "luganda": "Abantu basula mu nsisira nga mulimu amasannyalaze." }, { "english": "People had light in their homes and phone charging terminals.", "luganda": "Abantu baalina ekitangaala mu maka gaabwe ne we bateerako omuliro ku ssimu." }, { "english": "The government built a permanent house for the resident who offered his land.", "luganda": "Gavumenti yazimbira omutuuze eyawaayo ettaka lye enyumba ey'obuwangaazi ." }, { "english": "Some people turned against the power project because the resident was promised a house.", "luganda": "Abantu abamu beefuulira pulojekiti y'amasannyalaze kubanga omutuuze yasuubizibwa ennyumba." }, { "english": "People were arrested for stealing power cables.", "luganda": "Abantu baakwatibwa olwokubba waya z'amasannyalaze." }, { "english": "People started vandalising property on the power station.", "luganda": "Abantu baatandika okwonoona ebikozesebwa ku kkolero ly'amasannyalaze." }, { "english": "People removed turbines from the power station.", "luganda": "Abantu bagyayo yingini ezikuba amazzi ku kkolero ly'amasannyalaze." }, { "english": "People failed to steal the heavy batteries on the power station.", "luganda": "Abantu baalemererwa okubba bbaatule ezizitowa okuva ku kkolero ly'amasannyalaze." }, { "english": "The government provided the solar system as an alternative energy source.", "luganda": "Gavumenti yawaayo ebikozesebwa by'amaanyi g'enjuba nga ekika ky'amasannyalaze ekirala." }, { "english": "The pico power project turned residents against each other.", "luganda": "Pulojekiti ya pico yaleetawo enjawukana mu batuuze." }, { "english": "The power station is now covered with extensive natural vegetation.", "luganda": "Ekkolero ly'amasannyalaze kati lisakaatidde omuddo." }, { "english": "People are now engaging in agricultural activities.", "luganda": "Abantu kati benyigidde mu bulimi." }, { "english": "Onduparaka’s new signing promised to play his best football for the club.", "luganda": "Omusambi omupya eyawandiisibwa mu Onduparaka yasuubiza okusambira ttiimu n'amaanyi." }, { "english": "The signing is a former Kampala capital city authority skipper.", "luganda": "Eyawandiisibwa ye yali omuduumizi w'omupiira mu ttiimu ya Kampala Capital City Authority." }, { "english": "The signing explained that the team is ready motivated and eagerly waiting for the match.", "luganda": "Okumuwandiisa kwalaga nti ttiimu nneetegefu erina amaanyi erindiridde oluzannya." }, { "english": "The signing asserted that Onduparaka is not afraid of KCCA.", "luganda": "Okumuwandiisa kwakakasa nti Onduparaka tetidde ttiimu ya Kampala Capital City Authority." }, { "english": "Onduparaka has some of the best players in the league.", "luganda": "Onduparaka erina abamu ku bazannyi abasinga mu lwokaano." }, { "english": "Onduparaka looks forward to winning the game.", "luganda": "Onduparaka malirivu okuwangula omuzannyo." }, { "english": "Onduparaka desperately needs to get the three points off the Kasasiro boys.", "luganda": "Onduparaka yeetagira ddala obubonero busatu okuva ku Kasasiro boys." }, { "english": "Onduparaka is not a defensive-minded team but an attacking team.", "luganda": "Onduparaka tesamba mupiira gwa kuzibira wabula esamba gwa kulumba." }, { "english": "Onduparaka is unbeaten at the Green Light Stadium.", "luganda": "Onduparaka tekubwangako mu kisaawe kya Green Light." }, { "english": "Kampala capital city authority has the squad depth in the league.", "luganda": "Ttiimu ya Kampala Capital City Authority erinayo babinywera mu liigi.." }, { "english": "Onduparaka needs to work hard when they are out of possession.", "luganda": "Ttiimu ya Onduparaka erina okukola ennyo bwe baba tebalina mupiira." }, { "english": "Onduparaka is a very good team when they have possession.", "luganda": "Onduparaka ttiimu nnungi nnyo nga erina omupiira." }, { "english": "Onduparaka should not allow Kampala capital city authority to play their game.", "luganda": "Onduparaka terina kukkiriza Kampala Capital City Authority kuzannya muzannyo gwabwe." }, { "english": "Players are supposed to work together on the pitch to get results.", "luganda": "Abazannyi balina okukolera awamu mu kisaawe okusobola okufuna obubonero." }, { "english": "One of the best players of Onduparaka returned to the squad after an injury.", "luganda": "Omu ku bazannyi abalungi aba Onduparaka yakomawo mu kibinja oluvanyuma lw'obuvune." }, { "english": "Onduparaka will play the game against Kasasiro boys without their skipper.", "luganda": "Onduparaka ejja kuvuganya ne ba Kasisiro boys nga terina kapiteni waayo." }, { "english": "Kampala capital city authority football club did not hold any press conference.", "luganda": "Ttiimu ya Kampala Capital City Authority teyakuba lukungaana lwa bannamawulire lwonna." }, { "english": "Four candidates in Arua sat their Uganda Certificate of Examinations from outside.", "luganda": "Abayizi bana okuva mu Arua baatuulira bweru ebigezo byabwe ebyakkamalirizo ku ddala lya sekendule." }, { "english": "The candidates were suspended from school after displaying their high levels of indiscipline.", "luganda": "Abayizi baawummuzibwa okuva ku ssomero oluvannyuma lwokwolesa obusiiwuufu bw'empisa obwa waggulu." }, { "english": "The four candidates master minded violence at school towards the end of the second term.", "luganda": "Abayizi abana be baakuliramu okwegugunga mu ssomero ng'olusoma olw'okubiri lunaatera okuggwako." }, { "english": "The students are supposed to be at school during examination hours.", "luganda": "Abayizi bateekeddwa okubeera ku ssomero mu ssaawa z'ebibuuzo." }, { "english": "The school cannot tolerate lawbreakers.", "luganda": "Essomero terisobola kugumiikiriza bamenyi b'amateeka." }, { "english": "Students protested because the management failed to refund money for the failed trip.", "luganda": "Abayizi baawakanya abatwala essomero olwobutabaddiza ssente ng'olulambula teruliiyo." }, { "english": "The students were registered with the Uganda National Examinations Board.", "luganda": "Abayizi baawandiisibwa eri ekitongole ekitwala ebigezo mu ggwanga." }, { "english": "The school allowed them to sit for the examinations.", "luganda": "Essomero lya bakkiriza okutuula ebigezo." }, { "english": "The government has not provided enough support for the schools.", "luganda": "Gavumenti tewadde masomero buyambi bumala." }, { "english": "The school management should establish strict rules and regulations.", "luganda": "Abatwala essomero balina okubaga amateeka n'ebiragiro." }, { "english": "Parents asserted that students should behave well in society.", "luganda": "Abazadde bakkaatiriza nti abayizi bateekeddwa okweyisa obulungi mu kitundu." }, { "english": "The suspension of these students will be an example for the rest.", "luganda": "Okuwummuzibwa kw'abayizi bano kujja kuba kya kulabirako eri abasigadde." }, { "english": "The school lost its first headteacher in the first term.", "luganda": "Essomero lyafiirwa omukulembeze walyo eyasooka mu lusoma olusooka." }, { "english": "Fifty-five candidates were registered with the Uganda National Examinations Board.", "luganda": "Abayizi attaano mu battaano be baawandiisibwa n'ekitongole ekitwala ebigezo mu ggwanga." }, { "english": "Many people want to serve in the Local defence unit but they lack qualification.", "luganda": "Abantu bangi baagala okuweereza mu kitongole kyokukyalo ekikuuma ddembe naye tebalina bisaanizo." }, { "english": "The recruitment process was smooth and successful.", "luganda": "Okuwandiisa abayingira kwayanguwa era kwatambula bulungi." }, { "english": "How did they learn to play basketball?", "luganda": "Baayiga batya okuzannya omupiira gw'ensero?" }, { "english": "Which team won the Uganda Premier League last season?", "luganda": "Ttiimu ki eyawangula empaka za pulimiya liigi eza Uganda sizoni ewedde." }, { "english": "Which team won the game?", "luganda": "Ttiimu ki eyawangula omuzannyo?" }, { "english": "Name the body parts.", "luganda": "Mpa amannya g'ebitundu by'omubiri." }, { "english": "What is the process to get drivers' licenses?", "luganda": "Nkola ki egobererwa okufuna ebipapula ebikukkiriza okuvuga?" }, { "english": "My work license was stolen.", "luganda": "Layisinsi yange enzikiriza okukola yabibbwa." }, { "english": "Who is the top scorer this season?", "luganda": "Muteebi ki asinze mu luzannya luno?" }, { "english": "Are you driving an automatic car?", "luganda": "Ovuga mmotoka ettali ya ggiya?" }, { "english": "Our captain missed the game due to injury.", "luganda": "Akuulira ttimu yaffe yasubiddwa omuzannyo olw'obuvune." }, { "english": "We have a bad fixture.", "luganda": "Tulina oluzannya olwakaasa mmeeme." }, { "english": "Who is the owner of Onduparaka football club?", "luganda": "Ani nannyini ttiimu y'omupiira eya Onduparaka?" }, { "english": "Do you read newspapers?", "luganda": "Osoma amawulire g'empapula?" }, { "english": "When is the football season starting?", "luganda": "Sizoni y'empaka z'omupiira etandika ddi?" }, { "english": "How can I get a National identity card quickly?", "luganda": "Nsobola ntya okufuna ndagamuntu amangu?" }, { "english": "How can I get a new National identity card?", "luganda": "Nsobola ntya okufuna ndagamuntu empya?" }, { "english": "Which formation will Onduparaka be using in today's game?", "luganda": "Onduparaka eneekozesa bukodyo ki mu muzannyo gwa leero?" }, { "english": "Include my name on the payment list.", "luganda": "Erinnya lyange lyongereko ku lukalala lw'omusaala." }, { "english": "Why is the experienced player starting on the bench?", "luganda": "Lwaki omuzannyi omumanyirivu atandikira ku katebe?" }, { "english": "Epidemics usually spread fast.", "luganda": "Ebirwadde ebibalukawo bisaasaana mangu." }, { "english": "An epidemic is a disease that affects a large number of people within a community.", "luganda": "Endwadde ebalukawo y'endwadde ekosa abantu abangi mu kitundu." }, { "english": "Do we have Ebola in Uganda?", "luganda": "Tulina Ebola mu Uganda?" }, { "english": "What are contagious diseases?", "luganda": "Obulwadde obusiiga oluvannyuma lw'okukwatagana kw'abantu bwe buli wa?" }, { "english": "We need to install surveillance cameras.", "luganda": "Twetaaga okuteekayo kamera ennawunyi." }, { "english": "What is the scope of your business?", "luganda": "Bizinensi yo yenkana etya?" }, { "english": "Immunization is done to control epidemics.", "luganda": "Okugema kukolebwa okuziyiza endwadde ezibalukawo.." }, { "english": "How many people have died of Ebola?", "luganda": "Bantu bameka abafudde Ebola?" }, { "english": "How can the government support local businesses?", "luganda": "Gavumenti esobola etya okuyamba bizinensi ezawansi?" }, { "english": "The Ebola patient was taken for treatment.", "luganda": "Omulwadde wa Ebola yatwaliddwa okujjanjabibwa." }, { "english": "Government services do not reach remote communities.", "luganda": "Empeereza za gavumenti tezituuka mu byalo." }, { "english": "What is the risk assessment?", "luganda": "Okwekaliriza obulabe obuyinza okuva mu kintu kye ki?" }, { "english": "We have a surveillance system in place.", "luganda": "Tulinawo ebyuma ebikkesi mu kitundu." }, { "english": "We need a technical person for this job.", "luganda": "Twetaaga omuntu omukugu ku mulimu guno." }, { "english": "Which diseases are caused by bacteria?", "luganda": "Ndwadde ki ezireetebwa obuwuka bu bakitiiriya?" }, { "english": "That lady is so attractive.", "luganda": "Omukyala oyo asikiriza nnyo." }, { "english": "What are the most competitive teams in the Uganda premier league?", "luganda": "Ttiimu ki ezisinga okuvuganya mu mpaka z'ekikopo kya pulimiya eya Uganda?" }, { "english": "Is this your first game in the Uganda premier league?", "luganda": "Guno gwe muzannyo gwo ogusoose mu mpaka za pulimiya ya Uganda?" }, { "english": "Who is the most popular football fan in Uganda?", "luganda": "Muwagizi wa mupiira ki asinga okumanyika mu Uganda?" }, { "english": "Most men in Uganda like watching football.", "luganda": "Abasajja abasinga mu Uganda baagala okulaba omupiira." }, { "english": "A coach holds a press conference a day before the game.", "luganda": "Omutendesi atuuza olukungaana lwa bannamawulire eggulo limu ng'omuzannyo tegunnaba." }, { "english": "Players with serious injuries do not play football.", "luganda": "Abazannyi ablina obuvune obw'amaanyi tebasamba mupiira." }, { "english": "All players have a medical record of their health.", "luganda": "Abazannyi bonna balina ebiwandiiko by'eddwaliro eby'obulamu bwabwe." }, { "english": "The team with the most wins takes the trophy.", "luganda": "Ttiimu esinga obuwanguzi obungi yeetwala ekikopo." }, { "english": "Players wear different numbers for quick identification.", "luganda": "Abazannyi bambala ennamba ez'enjawulo okusobola okwawulibwa amangu." }, { "english": "He scored a hat trick in the game.", "luganda": "Yateeba ggoola ssatu mu muzannyo." }, { "english": "The coach is blamed for the team's poor performance.", "luganda": "Omutendesi anenyezebwa olw'enkola ya ttiimu embi." }, { "english": "Football is a game played in Uganda.", "luganda": "Okusamba omupiira muzannyo oguzannyibwa mu Uganda." }, { "english": "Coach manages the team.", "luganda": "Omutendesi yakwasaganya ttiimu." }, { "english": "It takes teamwork to achieve a goal.", "luganda": "Kyetaagisa okukolera awamu okuwangula" }, { "english": "Big companies sponsor football clubs.", "luganda": "Kampuni ennene zivujjirira kiraabu z'omupiira." }, { "english": "Which authority regulates betting companies in Uganda?", "luganda": "Kitongole ki ekivunaanyizibwa ku kampuni ezikuba zzaala mu Uganda?" }, { "english": "Can you share with me your wedding budget?", "luganda": "Osobola okugabana nange embalirira y'embaga yo?" }, { "english": "You dump the garbage at the collection points.", "luganda": "Ssuula kasasiro ku bifo webamukungaanyiza." }, { "english": "What is the population of Uganda?", "luganda": "Uganda erina obungi bw'abantu bameka?" }, { "english": "What kind of garbage disposal do I need?", "luganda": "Neetaaga kika ki eky'ekungaanyizo lya kasasiro?" }, { "english": "I can afford to buy that house.", "luganda": "Nsobola okugula ennyumba eyo." }, { "english": "What causes the high rate in Kampala?", "luganda": "Kiki ekireeta omujjuzo mu Kampala?" }, { "english": "How can I get new ideas?", "luganda": "Nsobola ntya okufuna ebirowoozo ebipya?" }, { "english": "You should come and visit me.", "luganda": "Olina okujja n'onkyalirira." }, { "english": "The phone number is registered in my names.", "luganda": "Ennamba y'essimu mpandiise mu mannya gange." }, { "english": "Before the ceremony started we sang the national anthem.", "luganda": "Omukolo nga tegunatandika twayimba oluyimba lw'eggwanga." }, { "english": "Ugandans are friendly people.", "luganda": "Bannayuganda bantu balungi nnyo." }, { "english": "Uganda is a pearl of Africa.", "luganda": "Uganda kkula lya Africa." }, { "english": "Trucks are used to bring water to refugee camps.", "luganda": "Emmotoka za kabangali zikozesebwa okuleeta amazzi mu nkambi z'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "We need to change leadership.", "luganda": "Twetaaga okukyusa obukulembeze." }, { "english": "Villagers fetch water from the well.", "luganda": "Bannakyalo bakima amazzi okuva ku luzzi." }, { "english": "Do you know your purpose in life?", "luganda": "Omanyi omugaso gwo mu bulamu?" }, { "english": "How can we promote hygiene in the refugee camps?", "luganda": "Tuyinza tutya okutumbula obuyonjo mu nkambi z'abanoonyiboobubudamu?" }, { "english": "We are going to tour around Lake Victoria.", "luganda": "Tugenda kulambula okwetoloola ennyanja Nalubaale." }, { "english": "Fish live in water.", "luganda": "Ebyennyanja bibeera mu mazzi." }, { "english": "How do I get a job in construction?", "luganda": "Nsobola ntya okufuna omulimu mu kuzimba?" }, { "english": "How sustainability programs create value?", "luganda": "Pulogulamu eziyamba mu buwangaazi zikolawo enjawulo?" }, { "english": "I cannot graduate without this project.", "luganda": "Si sobola kuttikirwa nga sirina pulojekiti eno." }, { "english": "The nature of my job requires me to work daily.", "luganda": "Omulimu gwange guneetagisa okukola buli lunaku." }, { "english": "Refugees stay in camps.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu babeera mu nkambi." }, { "english": "Rural communities don't have access to clean water.", "luganda": "Ebyalo tebirina we bijja mazzi mayonjo." }, { "english": "What is the source of the river Nile?", "luganda": "Ensibuko y'omugga Kiyira ye eri wa?" }, { "english": "Who will be supervising the exams?", "luganda": "Ani anaakuuma ebigezo?" }, { "english": "We need funds to construct a bridge.", "luganda": "Twetaaga ssente okuzimba olutindo." }, { "english": "When should I drink boiled water?", "luganda": "Ddi lwenina okunywa amazzi amafumbe?" }, { "english": "How much does it cost to have the land surveyed?", "luganda": "Kitwala ssente mmeka okupima ettaka." }, { "english": "Insecurity hinders development.", "luganda": "Obutali butebenkevu bulemesa enkulaakulana." }, { "english": "How much revenue was collected from the market?", "luganda": "Mpooza yenkana ki eyakungaanyizibwa okuva mu katale?" }, { "english": "How can we improve service delivery to our customers?", "luganda": "Tuyinza kulongoosa tutya empeereza yaffe eri abawagizi baffe?" }, { "english": "The police spokesperson appealed to the communities not to take the law into their hands.", "luganda": "Ayogerera poliisi yasaba abantu mu bitundu bireme kutwalira mateeka mu ngalo." }, { "english": "How do I set a reminder on my phone?", "luganda": "Nsobola ntya okuteekamu ekijjukizo mu ssimu yange?" }, { "english": "Kazinga channel links Lake Edward and Lake George.", "luganda": "Omukutu gwa Kazinga guyunga ennyanja Edward n'ennyanja George." }, { "english": "He was diagnosed with high blood pressure.", "luganda": "Yasangibwa ne puleesa ng'ali waggulu." }, { "english": "How can I solve this problem?", "luganda": "Nsobola ntya okugonjoola ekizibu kino?" }, { "english": "No matter what comes my way I am going to be the best.", "luganda": "Sifuddeeyo kiki kye kiika mu kkubo lyange ngenda kubasinga." }, { "english": "Who started the riot?", "luganda": "Ani yatandika akavuyo?" }, { "english": "Do you have a map of Kampala?", "luganda": "Olina maapu ya Kampala?" }, { "english": "We don't have enough funds and a lot is pending on this project.", "luganda": "Tetulina ssente zimala ate nga bingi tebinnakolebwa ku pulojekiti eno." }, { "english": "The management made the decision.", "luganda": "Obukulembeze bwakola okusalawo." }, { "english": "I have a date tonight.", "luganda": "Nina gwe ngenda okusisinkana ekiro ky'olwaleero." }, { "english": "How much work do you have?", "luganda": "Olina emirimu gyenkana ki?" }, { "english": "Who is in charge of the investigation?", "luganda": "Ani akulira okunoonyereza?" }, { "english": "You must pay back that money.", "luganda": "Olina okusasula ssente ezo." }, { "english": "Why is money from the Uganda road fund missing?", "luganda": "Lwaki ssente eziva mu kitongole ky'ebyenguudo tezirabika?" }, { "english": "Companies should secure more time to complete construction projects.", "luganda": "Kampuni ziteekeddwa okwongera obudde okumaliriza emirimu gy'okuzimba." }, { "english": "The construction will be complete the following year in February.", "luganda": "Okuzimba kujja kuba kuwedde omwaka ogujja mu mwezi gw'okubiri." }, { "english": "The public was warned against tarnishing the teacher's name.", "luganda": "Abantu baalabulwa ku kwonoona erinnya ly'omusomesa." }, { "english": "Teachers greatly influence student's characters.", "luganda": "Abasomesa bakola kinene ku nneyisa y'abayizi." }, { "english": "Teachers face very many challenges in the schools they teach.", "luganda": "Abasomesa basanga okusoomoozebwa kungi nnyo mu masomero gye basomesa." }, { "english": "Teachers are advised to stay away from loans.", "luganda": "Abasomesa bakubirizibwa okwewala okwewola okwamagoba." }, { "english": "All non-graduate teachers will be laid off.", "luganda": "Abasomesa bonna abataatikkirwa bajja kugobwa." }, { "english": "Parents are advised to respect school teachers.", "luganda": "Abazadde bakubirizibwa okuwa abasomesa ekitiibwa." }, { "english": "Teacher's retirement packages should be paid in time.", "luganda": "Akasiimo k'abasomesa ak'okuwummula kalina okusasulwa mu budde." }, { "english": "Poor school infrastructure hinders student performance in schools.", "luganda": "Endabika y'ebizimbe by'essomero embi eremesa ensoma y'omuyizi mu ssomero." }, { "english": "Teachers are responsible for better student performance.", "luganda": "Abasomesa be bavunaanyizibwa ku kusoma kw'omuyizi okulungi." }, { "english": "Headteachers are approved only if they are degree holders.", "luganda": "Abakulu b'amasomero bakkirizibwa singa baba balina ddiguli." }, { "english": "Only five teachers qualified for headteacher positions.", "luganda": "Abasomesa bataano bokka be baayitamu ku bifo by'okutwala obukulembeze bw'amasomero." }, { "english": "Teachers complain about inadequate salaries.", "luganda": "Abasomesa beemulugunya olw'omusaala omutono." }, { "english": "The teachers should be able to work under minimum supervision.", "luganda": "Abasomesa bateekeddwa okuba nga basobola okukola nga balondoolebwa kitono." }, { "english": "Students are advised to keep good sanitation.", "luganda": "Abayizi bakubirizibwa okukuuma obuyonjo." }, { "english": "Teachers play an important role in child development.", "luganda": "Abasomesa bakola omulimu munene ku nkula y'omwana." }, { "english": "Parents also play an important role in the student's school performance.", "luganda": "Abazadde nabo bakola omulimu munene ku nkola y'omwana mu ssomero." }, { "english": "About five hundred teachers are hired in secondary schools.", "luganda": "Abasomesa nga bitaano be baweereddwa emirimu mu masomero ga siniya." }, { "english": "The students are also members of the regional football club.", "luganda": "Abayizi nabo ba mmemba ba kiraabu y'omupiira ey'ekitundu." }, { "english": "The central region won the football match.", "luganda": "Ekitundu ky'omu masekati kye kyawangula oluzannya lw'omupiira." }, { "english": "He was voted the most valuable player of the match.", "luganda": "Yalondebwa ku bwomuzannyi asinga mu luzannya." }, { "english": "It is safe to not be very expectant during matches.", "luganda": "Kirungi obuteesunga nnyo mu biseera by'emizannyo." }, { "english": "Many players did not qualify to participate in the tournament.", "luganda": "Abazannyi bangi tebaayitamu mu kwetaba mu lwokaano." }, { "english": "Only one team can win the match.", "luganda": "Ttiimu emu yokka yesobola okuwangula oluzannya." }, { "english": "He failed to use his tactics to win the match.", "luganda": "Yalemererwa okukozesa obukodyo bwe okuwangula oluzannya." }, { "english": "They received a prize of thirty-five million Ugandan shillings.", "luganda": "Baafuna ekirabo kya bukadde asatu mu buttaano obwa ssente za Uganda." }, { "english": "Sixteen provinces participated in the competition.", "luganda": "Amasaza kkumi na mukaaga ge geetaba mu kuvuganya." }, { "english": "Fans have spearheaded the fundraising campaign.", "luganda": "Abawagizi be bakulembeddemu kakuyege w'okusonda ssente." }, { "english": "The fans will mobilize resources for the team.", "luganda": "Abawagizi bajja kukungaanya ebinaakozesebwa ttiimu." }, { "english": "All fans will contribute ten thousand shillings.", "luganda": "Abawagizi bonna bajja kuleeta omutwalo gumu ogwa Uganda." }, { "english": "Transportation of the club is very costly.", "luganda": "Okutambuza kiraabu kya bbeeyi nnyo." }, { "english": "The fans intend to buy a bus for the club.", "luganda": "Abawagizi baagala kugulira kibiinja bbaasi." }, { "english": "The fans raised two million shillings only.", "luganda": "Abawagizi baakungaanya obukadde bw'ensimbi bubiri bwokka." }, { "english": "They provided details of the account where money will be sent.", "luganda": "Baabawa ebikwata ku akawuti kwe banaasindika ssente." }, { "english": "The club impressed it's fans when it won the match.", "luganda": "Kiraabu yasanyusa abawagizi baayo bwe yawangula oluzannya." }, { "english": "We are advised to protect our culture's heritage.", "luganda": "Tukubirizibwa okukuuma enono z'obuwangwa bwaffe." }, { "english": "The constitution will promote unity among people.", "luganda": "Ssemateeka ejja kutumbula obumu mu bantu." }, { "english": "A working document was developed to promote constitution activities.", "luganda": "Ekiwandiiko ky'obukozi kyabagibwa okutumbula emirimu gya ssemateeka." }, { "english": "Clan leaders will become constitutional leaders.", "luganda": "Abakulembeze b'ekika be bajja okufuuka abakulembeze amateeka." }, { "english": "They pose the umbrella as their group sign.", "luganda": "Baalonze manvuuli ng'akabonero k'ekibiinja kyabwe." }, { "english": "Diversity makes unity a little complicated.", "luganda": "Enjawukana zireetera obumu okuzibuwala." }, { "english": "The leader portrayed a different picture to the public.", "luganda": "Omukulembeze yalaga ekifaananyi kirala eri abantu." }, { "english": "He was in power for five years.", "luganda": "Yamala emyaka ettaano mu bukulembeze." }, { "english": "They will hold a chief installation activity.", "luganda": "Bajja kubeera n'omulimu ogw'okuteekamu ebikozesebwa." }, { "english": "Members interested in becoming candidates should register as soon as possible.", "luganda": "Abantu abaagala okwesimbawo balina okwewandiisa amangu ddala nga bwe kisoboka.." }, { "english": "Constitutions should be used to promote peace.", "luganda": "Ssemateeka alina okukozesebwa okutumbula eddembe." }, { "english": "The constitution will not divide any groups of people.", "luganda": "Ssemateeka tejja kwawulamu kibiinja ky'abantu kyonna." }, { "english": "The church was established before the year two thousand.", "luganda": "Ekkanisa yazimbibwa ng'omwaka gw'enkumi bbiri tegunatandika." }, { "english": "Churches are essential for university development.", "luganda": "Ekkanisa za mugaso mu kutumbula ssettendekero." }, { "english": "The church was established with three objectives.", "luganda": "Ekkanisa yazimbibwa n'ebigendererwa bisatu." }, { "english": "The church is meant to fight any community shortcomings.", "luganda": "Ekkanisa egendereddwa kulwanyisa ebitateredde byonna mu kitundu." }, { "english": "Prayer is believed to move mountains.", "luganda": "Essaala emanyiddwa okugyawo ebizubu." }, { "english": "The preachings are based on Jesus' Bible teachings.", "luganda": "Enjiri yesigamiziddwa ku kusomesa kwa Yesu mu bayibuli." }, { "english": "The church was built alongside the university.", "luganda": "Ekkanisa yazimbibwa kumpi n'ettendekero." }, { "english": "Four more university branches were built in other country regions.", "luganda": "Amatabi ga ssematendekero amalala ana gaazimbibwa mu bitundu by'eggwanga ebirala." }, { "english": "All university branches have the same company teachings.", "luganda": "Amatabi ga ssematendekero gonna galina ensomesa ya kampuni yemu." }, { "english": "There are challenges involved in the church expansions in other regions.", "luganda": "Waliwo okusoomooza okuli mu kugaziya ekkanisa mu bitundu ebirala." }, { "english": "The recent graduate had a first-class degree.", "luganda": "Eyakattikirwa yayitira mu ddala lya ddiguli erisooka." }, { "english": "The students participated in community cleaning.", "luganda": "Abayizi beetaba mu kulongoosa ekitundu." }, { "english": "They prayed with the different church congregations.", "luganda": "Baasabira wamu n'abantu b'ekkanisa abalala." }, { "english": "The heavy rains blew off the roof.", "luganda": "Enkuba ennyingi yagyako akasolya." }, { "english": "She was found in a collapsed school building during the heavy rains.", "luganda": "Yasangibwa mu bizimbe by'essomero ebyagwa mu kaseera k'okuktoonya kw'enkuba ennyingi." }, { "english": "The victim's father was in another district during the incident time.", "luganda": "Taata w'eyakosebwa yali mu disitulikiti ndala enjega we yatuukirawo." }, { "english": "The wind blew off the roof during heavy rains.", "luganda": "Embuyaga yagyako akasolya mu nkuba ennyingi." }, { "english": "The administration failed to renovate the buildings.", "luganda": "Abaddukanya baalemererwa okuddaabiriza ebizimbe." }, { "english": "Books and textbooks were destroyed during the rains.", "luganda": "Ebitabo ebiwandiikibwamu n'ebisomebwa byayonoonebwa mu kaseera k'enkuba." }, { "english": "The victim was transferred to a nearby hospital.", "luganda": "Eyakosebwa yatwalibwa mu ddwaliro ery'okumpi." }, { "english": "The school will hold a stakeholders meeting to renovate the building.", "luganda": "Essomera lijja kutuuza akakiiko k'aba kwatibwako ensonga okuddaabiriza ebizimbe." }, { "english": "The victim's family will be relocated as soon as possible.", "luganda": "Amaka g'eyakosebwa gajja kusenguka mangu ddala nga bwe kisoboka." }, { "english": "The staff quarters need immediate attention because they are in poor condition.", "luganda": "Enyumba z'abasomesa zeetaaga okuddaabirizibwa kubanga ziri mu mbeera mbi." }, { "english": "The government will take over school construction.", "luganda": "Gavumenti ejja kweddiza okuzimba amasomero." }, { "english": "One student was left disabled after the floods.", "luganda": "Omuyizi omu yalekebwa n'obulemu oluvannyuma lw'amataba." }, { "english": "The national budget did not provide enough funds for school construction.", "luganda": "Embalirira y'eggwanga teyawa ssente zimala kuzimba masomero." }, { "english": "Funds should be specifically allocated to build permanent school structures.", "luganda": "Ssente zirina okuteekebwa ku kuzimba ebizimbe by'essomero ebiwangaazi." }, { "english": "The school celebrated seventy-five years of existence.", "luganda": "Essomero lyajjaguza emyaka nsanvu mu ettaano mu buweereza." }, { "english": "The school started as a vocational college.", "luganda": "Essomero lyatandika nga ery'ebyemikono." }, { "english": "The celebration started with a school match around the town.", "luganda": "Okujjaguza kwatandika n'okukumba kw'essomero okwetoloola ekibuga." }, { "english": "The teacher said he was grateful to have a job at the school.", "luganda": "Omusomesa yagamba nti yali musanyufu nnyo okufuna omulimu ku ssomero." }, { "english": "They have accomplished various achievements over the years.", "luganda": "Batuuse ku buwanguzi obwa buli ngeri emyaka gyonna." }, { "english": "School construction will start as soon as funds arrive.", "luganda": "Okuzimba kw'essomero kujja kutandika mangu ddala nga ssente zituuse." }, { "english": "The teacher requested that the funds are properly planned for.", "luganda": "Omusomesa yasaba nti ssente zikozesebwe bulungi nga bwe zaabalirirwa." }, { "english": "Collective responsibility will help improve students' academic performance.", "luganda": "Obuvunaanyizibwa obw'awamu bujja kulongoosa ensoma y'abaana." }, { "english": "The headteacher requested parents to take children to his school.", "luganda": "Omukulu w'essomero yasaba abazadde okutwala abaana ku ssomero lye." }, { "english": "The school requested that funds were provided to improve infrastructure.", "luganda": "Essomero lyasaba nti ssente ezabaweebwa zirongoose emizimbo." }, { "english": "The young students were motivated to join the school.", "luganda": "Abayizi abato baasikirizibwa okweyunga ku ssomero." }, { "english": "Special thanks were given to the old boys for their school contribution.", "luganda": "Okwebaza okwensuso kwawebwa abalenzi abaasomerako mu ssomero olw'ebyo bye baakola." }, { "english": "The church advised the public to work hard and improve on the education sector.", "luganda": "Ekkanisa yakubiriza abantu okukola ennyo okutumbula ebyenjigiriza." }, { "english": "The measure should be put in place to punish absent teachers in schools.", "luganda": "Enkola erina okuteekebwawo okubonereza abasomesa abayosa mu masomero." }, { "english": "The leaders all provided keynotes during their address to the public.", "luganda": "Abakulembeze bonna baawadde ensonga enkulu mu kwogera kwabwe eri abantu." }, { "english": "The community was worried about declining student performance in school.", "luganda": "Abantu mu kitundu baali beraliikirivu olwokuddirira kw'ensoma y'abayizi." }, { "english": "Students were advised to stay away from drugs and alcohol.", "luganda": "Abayizi baabuulirirwa okwewala okukozesa ebiragalalagala n'omwenge." }, { "english": "Students were also told to stay away from bad company.", "luganda": "Abayizi era baagambibwa n'okwewala emikwano emibi." }, { "english": "School headteachers should promote unity with other schools in the region.", "luganda": "Abakulu b'amasomero balina okutumbula enkolagana ey'awamu n'amasomero amalala mu kitundu." }, { "english": "The schools should also work in hand with the churches.", "luganda": "Amasomero galina okukolaganira awamu n'amakanisa." }, { "english": "Peaceful study environments should promote improved student performance.", "luganda": "Obwebulungulule obw'eddembe okusomeramu bulina okwongera ku nkola y'abayizi." }, { "english": "The region has some of the best schools in the country.", "luganda": "Ekitundu kirina agamu ku masomero agasinga mu ggwanga." }, { "english": "The school team won the sports tournament.", "luganda": "Ttiimu y'essomero yawangula empaka z'emizannyo." }, { "english": "The goalkeeper helped with the three points win for the school team.", "luganda": "Omukwasi w'omupiira yawangulidde ttimu y'essomero obubonero busatu." }, { "english": "The team has a lot of work to do if they plan on winning the game.", "luganda": "Ttiimu erina bingi ebyokukola bweba eteekateeka okuwangula omuzannyo." }, { "english": "Handicap is a sports game.", "luganda": "Handikaapu muzannyo." }, { "english": "The government should establish public grazing areas for local people.", "luganda": "Gavumenti erina okuteerawo abantu ba bulijjo ebifo by'olukale aw'okulundira." }, { "english": "Tobacco cultivation causes deforestation.", "luganda": "Okulima taaba kuleetera okusanyaawo ebibira." }, { "english": "Many regions which produce tobacco face a challenge of food insecurity and hunger.", "luganda": "Ebitundu bingi ebirima taaba bisanga okusoomoozebwa kw'ebbula ly'emmere n'enjala." }, { "english": "Valuable species of trees are cut down.", "luganda": "Ebika by'emiti eby'omuwendo bisalibwa." }, { "english": "The district is at risk of soil erosion and degradation.", "luganda": "Disitulikiti eri ku bunkenke bw'okulukuta kw'ettaka n'okusanawo." }, { "english": "There are land wrangles between the colonialists and the residents.", "luganda": "Waliwo enkayana z'ettaka wakati w'abafuzi abagwira n'abatuuze." }, { "english": "Land used for growing eucalyptus trees can be used for growing food crops.", "luganda": "Ettaka eririmibwako kalittunsi lisobola okurimibwako ebirime." }, { "english": "Leaders should have a good relationship with their people.", "luganda": "Abakulembeze balina okubeera nenkolagana ennungi n'abantu." }, { "english": "Good quality work done speaks louder than the academic papers.", "luganda": "Omulimu gw'omutindo ogukoleddwa gusinga empapula z'obuyigirize." }, { "english": "The minister addressed the issue in a two-day meeting.", "luganda": "Omubaka yayanjudde ensonga mu lukiiko lw'ennaku bbiri emabega." }, { "english": "The local leaders are supposed to reach out to the people on the ground.", "luganda": "Abakulembeze b'ebyalo balina okutuuka wansi mu bantu." }, { "english": "People should be given skills to help them get jobs of their own.", "luganda": "Abantu balina okuwebwa obukugu okubayamba okwefunira emirimu ku lwabwe." }, { "english": "A meeting was held discussing ways of reaching the people on the ground.", "luganda": "Olukiiko lwatudde okuteesa ku engeri yokutuuka wansi mu bantui." }, { "english": "The investor promised to transform the remote area into an industrial park.", "luganda": "Musiga nsimbi yasubiiza okukyusa ekyalo okukifuula ekitundu eky'amakolero." }, { "english": "Uganda has a good relationship with its neighbouring countries.", "luganda": "Uganda eyina enkolagana ennungi n'emiriraano gyayo." }, { "english": "All countries in Africa should come together as one.", "luganda": "Ensi zonna ku ssemazinga wa Afirika zisaanide okwegatta." }, { "english": "There are a lot of business activities in the border districts.", "luganda": "Waliwo emirimu mingi egiddukanyizibwa ku nsalo za disitulikiti." }, { "english": "He was happy that many people in business turned up for the meeting.", "luganda": "Yabadde musanyufu nti abantu bangi bakiise mu lukiiko." }, { "english": "He wants their region to become a city next year.", "luganda": "Ayagala ekitundu kyabwe kifuuke ekibuga omwaka ogujja." }, { "english": "The organization was thanked for educating peasants.", "luganda": "Ekitongole kyebaziddwa olw'okusomesa abakopi." }, { "english": "Women were introduced to different skills.", "luganda": "Abakyala bayanjuddwa eri obukugu obw'enjawulo." }, { "english": "The prime minister will chair the three days meeting.", "luganda": "Ssabaminisita wakukubiriza olukiiko lw'ennaku essatu." }, { "english": "It is a long process to access these loans.", "luganda": "Emitendera miwanvu egiyitibwamu okwewola ensimbi." }, { "english": "Teachers have joined these groups to support their saving and borrowing money.", "luganda": "Abasomesa beegasse ku bibiina bino okunyweza okutereka n'okwewola yo ensimbi." }, { "english": "The government has invested two hundred million shillings in the teacher groups.", "luganda": "Gavumenti esize obukadde bw'ensimbi bibiri mu bibiina by'abasomesa." }, { "english": "Three organizations from different regions have received the funds.", "luganda": "Ebitongole bisatu okuva mu bitundu eby'enjawulo bifunye ensimbi." }, { "english": "Many teachers have benefited from having side businesses.", "luganda": "Abasomesa bangi baganyuddwa mu kubeera n'obulimu bw'ebbali." }, { "english": "The organization ran out of money before some teachers received it.", "luganda": "Ekitongole kyaggwamu ssente ng'abasomesa abamu tebannazifuna." }, { "english": "There are many organizations which haven't received the money.", "luganda": "Waliwo ebitongole bingi ebitannafuna nsimbi." }, { "english": "The group leaders are asked to mobilise more people to join them.", "luganda": "Abakulu b'ebibiina basabiddwa okukunga abantu bangi okubegatako." }, { "english": "Microfinance banks don't have good interest rates.", "luganda": "Banka eziwola ssente tezirina magoba malungi." }, { "english": "Some organizations are not working hand in hand with others.", "luganda": "Ebitongole ebimu tebikolagana na birala." }, { "english": "The teachers decided to support their own organizations formed at the village level.", "luganda": "Abasomesa baasalawo okuwagira ebitongole byabwe ebyazimbibwa ku musingi gw'ekyalo." }, { "english": "Public school teachers are highly indebted.", "luganda": "Abasomesa ba gavumenti babanjibwa nnyo." }, { "english": "The salary teachers get is not enough to cater for their daily needs.", "luganda": "Omusaala abasomesa gwe bafuna tegumala kulabirira byetaago byabwe eby'olunaku.." }, { "english": "The district education officer doesn't allow teachers to practice multiple borrowing.", "luganda": "Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti takiriza basomesa kwewola mirundi mingi." }, { "english": "Money borrowed from the organization will help them improve their lives.", "luganda": "Ssente ze bewola okuva mu kitongole zijja bayamba okulongoosa obulamu bwabwe." }, { "english": "They will get money at a very low-interest rate.", "luganda": "Bajja kufuna ssente ku bisale by'amagoba ebitono ddala." }, { "english": "It is expected to improve the lives of people in this region.", "luganda": "Kisuubirwa okulongosa obulamu bw'abantu mu kitundu kino." }, { "english": "They have never had such a groundbreaking ceremony in their region.", "luganda": "Tebafunangako mukolo nga guno guyugumya kitundu kyabwe." }, { "english": "How will your services benefit our University?", "luganda": "Obuwereza bwamwe bunaagasa butya ssetendekero waffe?" }, { "english": "We are always ready to receive guests.", "luganda": "Tubeera betegefu okwaniriza abagenyi." }, { "english": "There are different organizing committees from other parts of the country.", "luganda": "Waliwo ebitongole ebitegesi eby'enjawulo okuva mu bitundu by'eggwanga." }, { "english": "We are well prepared to host the guests.", "luganda": "Tuli betegefu bulungi okwaniriza abagenyi." }, { "english": "It is a source of income to the hosting district.", "luganda": "Nsibuko ya nnyingiza ey'ensimbi eri disitulikiti ekyaza." }, { "english": "They have prepared good and healthy accommodation for the guests.", "luganda": "Bategese awokusula awalungi eri abagenyi." }, { "english": "Local leaders are urging people to keep the city clean.", "luganda": "Abakulembeze b'okukyalo bakubiriza abantu okukuuma ekibuga nga kiyonjo." }, { "english": "There are many tourist attractions in our district.", "luganda": "Waliwo ebisikiriza abulambuzi bingi mu disitulikiti yaffe." }, { "english": "Development of oil and gas will attract development in the area.", "luganda": "Okulaakulanya eby'amafuta ne gaasi bijja kusikiriza enkulakulana mu kitundu." }, { "english": "There will be a poverty reduction.", "luganda": "Wajja kubaawo okukendeera mu bwavu." }, { "english": "Business partners from outside make good quality products.", "luganda": "Bannamikago mu busuubuzi okuva ebweru bakola ebintu ebiri ku mutindo." }, { "english": "To reduce the crime rate the police should always be alerted.", "luganda": "Police erina okutegezebwako okukendeeza ku bumenyi bw'amateeka." }, { "english": "Tobacco is harmful to life.", "luganda": "Taaba wabulabe eri obulamu." }, { "english": "Growing crops on a large scale are more profitable.", "luganda": "Okulimira awanene kuliko amagoba mangi." }, { "english": "Once charcoal usage stops there will be a decrease in deforestation.", "luganda": "Enkozesa y'amanda bweyimirira wajja kubeerawo okukendeera mu kusala emiti" }, { "english": "It is a source of income for refugees.", "luganda": "Nsibuko ya nyingiza ey'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "Smoking damages the respiratory system of the body.", "luganda": "Okufuuweta sigala kwonona amawugwe." }, { "english": "Despite the health risks many people continue to smoke.", "luganda": "Abantu bangi bakyafuuwa sigala newankubadde wabulabe eri obulamu." }, { "english": "Organizations are coming up to sensitize people to stop smoking.", "luganda": "Ebitongole bivaayo okukubiriza abantu okuva ku sigala." }, { "english": "The tobacco industry has been in existence for over forty years.", "luganda": "Amakolero ga taaba gabaddewo okusukka mu myaka ana." }, { "english": "They are teaching the community the dangers related to smoking.", "luganda": "Bali mu kusomesa bantu ku bulabe obuli mu kufuuwa sigala." }, { "english": "Smoke at your own risk.", "luganda": "Fuuweta sigala kululwo." }, { "english": "Ugandan laws are not seriously taken into consideration.", "luganda": "Amateeka ga Uganda tegateekebwa bulungi mu nkola." }, { "english": "Many people were charged and jailed for cases related to smoking.", "luganda": "Abantu bangi bavunaanibwa ne basibibwa lwa kufuuweta sigala." }, { "english": "It is illegal to smoke in public places.", "luganda": "Kimenya mateeka okufuweetera sigala mu lujudde." }, { "english": "Smoking tobacco damages the heart.", "luganda": "Okufuuwa taaba kwonoona omutima." }, { "english": "Smoking causes Cancer.", "luganda": "Okufuuwa sigala kuleeta kokolo." }, { "english": "Blood vessels in the body are damaged by smoking.", "luganda": "Obusuwa bw'omusaayi bw'ononeka lwa kufuuwa sigala." }, { "english": "Smoking increases anxiety and tension.", "luganda": "Okufuuwa sigala kwongera obweraliikirivu n'obunkenke." }, { "english": "Organizations are researching the effects of tobacco.", "luganda": "Ebitongole binoonyereza ku bulabe bwa taaba." }, { "english": "A big number of people use tobacco.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu bangi bakozesa taaba." }, { "english": "Cigarette smoking causes lung cancer.", "luganda": "Okufuuwa sigala kuleeta kookolo w'amawuggwe." }, { "english": "A big percentage of people discourage the use of tobacco products.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu bangi gugaana okukozesa ebintu ebiva mu taaba." }, { "english": "Heavy taxes are imposed on tobacco products.", "luganda": "Omusolo omuzito guteekebwa ku biva mu taaba." }, { "english": "Government invests a lot of money in health annually.", "luganda": "Gavumenti esiga ensimbi nnyingi mu by'obulamu buli mwaka." }, { "english": "A father that smokes puts the life of his wife and children at risk.", "luganda": "Taata afuuwa sigala ateeka obulamu bwa mukyala we n'abaana be ku bunkenke." }, { "english": "Smoking damages the sense of smell.", "luganda": "Okufuuwa sigala kwonono ekintundu ekiwunyiriza." }, { "english": "Passive smoking is the inhalation of smoke.", "luganda": "Okusika omukka gw'omuntu afuuweeta ssigala kwe kugumira mu mawuggwe." }, { "english": "It is a source of income to the farmers who sell tobacco leaves.", "luganda": "Nsibuko ya nyingiza eri abalimi abatunda ebikooka bya taaba." }, { "english": "Cigarette factories continue to make a lot of money in selling tobacco products.", "luganda": "Amakolero ga sigala gakyayongera okukola ssente mu kutunda ebiva mu taaba." }, { "english": "Teens who have friends who smoke automatically begin smoking.", "luganda": "Abavubuka abalina emikwano egifuuwa sigala kyadaaki batandika okumufuweeta." }, { "english": "It is difficult to quit smoking because of the addiction.", "luganda": "Kizibu okukomya okufuuwa sigala olw'okumwemanyiza." }, { "english": "A child of ten years is supposed to be in primary four.", "luganda": "Omwama w'emyaka kkumi ateekeddwa kuba mu pulayimale yakuna." }, { "english": "The young boy ensures total cleanliness at home before he goes to school.", "luganda": "Omulenzi akakasa nti alongoseza ddala awaka nga tannagenda ku somero." }, { "english": "The vegetable garden is a source of income to the family.", "luganda": "Ennimiro y'enva endiirwa nsibuko ya ssente ewaka." }, { "english": "The boys are taught by their parents how to manage the garden.", "luganda": "Abalenzi basomesebwa bazadde baabwe engeri y'okulabiriramu ennimiro." }, { "english": "They also grow crops for home consumption.", "luganda": "Nabo basimba mmere yakulya." }, { "english": "Their family has benefited from the nutrition program for refugees.", "luganda": "Amaka gaabwe gaganyuddwa okuva mu ntegeka y'endiisa ennungi y'abanoonyiboobubudamu" }, { "english": "The project will help refugees in proper feeding and improving their diets.", "luganda": "Entegeka ejja kuyamba abanoonyiboobubudamu mu kulya obulungi n'okulongoosa eby'endya." }, { "english": "It is in conjunction with other organizations.", "luganda": "Eri mu nkwatagana n'ebitongole ebirala." }, { "english": "The project is aimed at the well being of refugees.", "luganda": "Pulojekiti egenderedde kubezaawo obulungi abanoonyiboobubudamu" }, { "english": "The organization gives foodstuffs to refugees every month.", "luganda": "Ekitongole kiwa abanoonyiboobubudamu emmere buli mwezi." }, { "english": "The food distributed isn't enough for the whole month.", "luganda": "Emmere egabiddwa temala mwezi mulamba." }, { "english": "The garden is her other source of income.", "luganda": "Ennimiro nsibuko ye endala mw'agya ensimbi." }, { "english": "They lack the skills and knowledge of vegetable growing.", "luganda": "Babulamu obukugu n'amagezi mu kulima enva endiirwa." }, { "english": "You can make a vegetable garden on a small piece of land.", "luganda": "Osobola okola ennimiro y'enva endirwa ku kataka akatono." }, { "english": "He wants to extend his garden and grow more vegetables.", "luganda": "Ayagala kugaziya nnimiro ye kulimako bivaavava birala." }, { "english": "Farmers are trained on how to have productive gardens.", "luganda": "Abalimi batendekebwa ku ngeri y'okubeeramu n'ennimiro ezeyagaza." }, { "english": "Women in the refugee camps are highly participating.", "luganda": "Abakyala mu nkambi z'abanoonyiboobubudamu betabiramu ddala." }, { "english": "Vegetables are easily grown even on a small piece of land.", "luganda": "Ebivaavava byangu byakulima ne ku kataka akatono." }, { "english": "People need to be sensitized about their physical health.", "luganda": "Abantu beetaaga okusomesebwa ku bulamu bw'omubiri gwabwe." }, { "english": "Refugees need moral support.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu beetaga okuyambibwako mu by'empisa." }, { "english": "Some food was donated to the refugees.", "luganda": "Emmere emu yatoneddwa eri abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "They were advised on how best to run their business profitably.", "luganda": "Baweereddwa amagezi ku ngeri yokuddukanyamu eby'obusuubuzi byabwe okufunamu amagoba." }, { "english": "Leaders gathered for a workshop yesterday.", "luganda": "Abakulembeze bakungaanye mu kubangulwa eggulo." }, { "english": "The workshop comprised leaders from all parts of the country.", "luganda": "Omusomo gwabaddemu abakulembeze okuva mu bitundu by'eggwanga lyonna." }, { "english": "Every leader shared their constituency's budget.", "luganda": "Buli mukulembeze yagabanye embalirira y'ekitundu ky'akiikirira." }, { "english": "People should be economically empowered.", "luganda": "Abantu balina okutumbulwa mu by'enfuna." }, { "english": "There is a need for people to unite and work towards development.", "luganda": "Kyetaagisa abantu okwegatta n'okukolera awamu ku lw'enkulaakulana." }, { "english": "Justice should prevail in our country.", "luganda": "Eddembe lirina okubeera mu gwanga lyaffe." }, { "english": "The government should work effectively to solve people's problems.", "luganda": "Gavumenti erina okukola obulungi okugonjoola ebizibu by'abantu." }, { "english": "The community members forwarded their problems to the chairman.", "luganda": "Abatuze b'ekitundu baweerezza ssentebe ebizibu byabwe." }, { "english": "The old man was taken to court.", "luganda": "Omusajja omukadde yatwaliddwa mu kkooti." }, { "english": "Orphans should be guided and counselled.", "luganda": "Bamulekwa balina okulambikibwa n'okubuulirirwa." }, { "english": "It is challenging to grow up as an orphan sometimes.", "luganda": "Ebiseera ebisinga kisomooza nnyo okula nga mulekwa." }, { "english": "He has earned a lot of money based on his talent.", "luganda": "Akoze ssente nnyingi okusinzira ku kitone kye." }, { "english": "Women were stopped from contesting for any political positions.", "luganda": "Abakyala bakomezebwa okuvuganya ku bifo by'obufuzi." }, { "english": "The lady divorced her husband.", "luganda": "Omukazi yayawukanye be bbaawe." }, { "english": "Single mothers had an empowerment workshop.", "luganda": "Bannakyeyombekedde baabadde n'omusomo gw'okubakulaakulanya." }, { "english": "The Bishop was very grateful to all people that donated money.", "luganda": "Omulabirizi yasiimye nnyo abantu bonna abawaddeyo ssente." }, { "english": "My late son was laid to rest yesterday.", "luganda": "Mutabani wange omugenzi yaziikiddwa jjo." }, { "english": "We should always support each other.", "luganda": "Tulina okuwagiragana" }, { "english": "He said we should do good to others.", "luganda": "Yagambye tulina okuyisa obulungi abalala." }, { "english": "Some leaders are not corrupt.", "luganda": "Abakulembeze abamu beerufu." }, { "english": "He reads the Bible every day.", "luganda": "Asoma bayibuli buli lunaku." }, { "english": "Kind people are always rewarded.", "luganda": "Abantu ab'ekisa bawebwa ebirabo." }, { "english": "He told us not to hold grudges.", "luganda": "Yatugambye obutakuuma busungu." }, { "english": "We listened to the pastor's sermon.", "luganda": "Twawulirizza enjiri y'omusumba." }, { "english": "Many people are still selfish.", "luganda": "Bantu bangi bakyeyagaliza bokka." }, { "english": "Human beings are very materialistic.", "luganda": "Abantu baagala nnyo ebyenfuna." }, { "english": "His father is a very old man.", "luganda": "Taata we musajja mukadde nnyo." }, { "english": "He did not go to school today.", "luganda": "Teyagenze ku ssomero leero." }, { "english": "He learnt how to speak English.", "luganda": "Yayiga okwogera oluzungu." }, { "english": "He tested positive for high blood pressure.", "luganda": "Yasangiddwa ng'ayina puleessa." }, { "english": "Our parish priest was transferred to another parish.", "luganda": "Kabona waffe ow'omuluka baamusindise mu muluka omulala." }, { "english": "There are so many newly ordained priests.", "luganda": "Waliwo bangi abafuuse bakabona abapya ." }, { "english": "They voted for new leaders today.", "luganda": "Balonze abakulembeze abapya leero." }, { "english": "The community was very excited to welcome the new priest.", "luganda": "Ekyalo kyasanyuse okwaniriza kabona omupya." }, { "english": "There have been so many misunderstandings in the family.", "luganda": "Wabaddewo obutakkaanya bungi mu maka." }, { "english": "The accused was sent to court.", "luganda": "Omuvunaanwa yasindikidwa mu kooti." }, { "english": "His son sold the vehicle.", "luganda": "Mutabani we yatunda emmotoka." }, { "english": "The whole family hated him.", "luganda": "Amaka gonna gaamukyawa." }, { "english": "He has stayed here for a year now.", "luganda": "Abadde wano okumala mwaka gumu kati." }, { "english": "The church leaders served the congregation so well.", "luganda": "Abakulembeze b'ekkanisa baagabudde bulungi abaakungaana." }, { "english": "The community has been so peaceful for the past one year.", "luganda": "Ekitundu kibadde kitebenkevu omwaka gumu emabega." }, { "english": "He encouraged us not to give up.", "luganda": "Yatukubiriza okulemerako." }, { "english": "He made people very positive about the future.", "luganda": "Yatangaaza abantu ku biseera byabwe eby'omumaaso." }, { "english": "The congregation attentively listened to the sermon.", "luganda": "Olukungaana lwawulirizza enjiri n'obwegendereza." }, { "english": "The new church leaders were warmly welcomed.", "luganda": "Abakulembeze abapya bayanirizibwa bulungi." }, { "english": "Students are encouraged to develop a skill like cooking.", "luganda": "Abayizi bakubiriziddwa okulaakulanya obukugu nga okufumba." }, { "english": "The priest condemned teenage pregnancies.", "luganda": "Kabona yavumiridde embuto mu bawala abatanetuuka." }, { "english": "He called upon parents to guide their children.", "luganda": "Yakunze abazadde okukuuma abaana baabwe." }, { "english": "Women had a workshop today morning.", "luganda": "Abakazi baabadde n'okubangulwa leero ku makya." }, { "english": "We should always go to church.", "luganda": "Tulina okugendanga ku kkanisa." }, { "english": "Students are worried about the future.", "luganda": "Abayizi beeralikiridde ku biseera eby'omumaaso." }, { "english": "He spoke about personal hygiene.", "luganda": "Yayogedde ku kubeera omuyonjo." }, { "english": "He advised us not to lose focus.", "luganda": "Yatuwabudde obutava ku mulwamwa." }, { "english": "He also said we should be determined.", "luganda": "Era yagambye tulina okuba abamalirivu." }, { "english": "Personal hygiene should be maintained.", "luganda": "Obuyonjo bulina okukuumibwa." }, { "english": "He laughed so loudly that everyone looked at him.", "luganda": "Yasekedde waggulu nnyo buli omu n'amutunuulira." }, { "english": "He told us to make good friends.", "luganda": "Yatugamba okukola emikwano emirungi." }, { "english": "The education system needs to be improved.", "luganda": "Omuyungo gw'ebyenjigiriza gwetaaga okulongoosebwa." }, { "english": "Students performed so well this year.", "luganda": "Abayizi baakola bulungi omwaka guno." }, { "english": "There is a high rate of unemployment.", "luganda": "Waliwo ebbula ly'emirimu ddene." }, { "english": "The football tournament will be held next week.", "luganda": "Empaka z'omupiira zakubaawo wiiki ejja." }, { "english": "The tournament was aimed at promoting students' talents.", "luganda": "Empaka zaagenderera kutumbula bitone by'abasomi." }, { "english": "We were advised to discover our talents soon enough.", "luganda": "Twakubirizibwa okuzuula ebitone byaffe bunnambiro." }, { "english": "She said we should embrace our talents.", "luganda": "Yagambye tulina okulaga ebitone byaffe." }, { "english": "All schools were registered for the national sports competition.", "luganda": "Amasomero gonna gewandiisa mu mpaka z'emizannyo egy'eggwanga." }, { "english": "Airtel sponsored the school sports gala.", "luganda": "Airtel yawagidde emizannyo mu ssomero." }, { "english": "The school was seeking financial support from sponsors.", "luganda": "Essomero lyabadde linoonya ensimbi okuva mu bamusiga nsimbi." }, { "english": "There is a need to construct better roads.", "luganda": "Waliwo obwetavu bw'okuzimba enguuddo ennungi." }, { "english": "Leaders wrote requisitions for development money from the government.", "luganda": "Abakulembeze yawandiise nga asaba ssente z'enkulaakulana okuva mu gavumenti." }, { "english": "The final football match will be played today.", "luganda": "Empaka z'omupiira ezakamalirizo zakuzannyibwa leero." }, { "english": "There are many presidential candidates.", "luganda": "Abesimbye ku ky'obukulembeze bw'eggwanga bangi." }, { "english": "The presidential candidates met up today.", "luganda": "Abesimbyewo ku ky'obukulembeze b'eggwanga basisinkanye leero." }, { "english": "A lot needs to be done to develop Uganda.", "luganda": "Bingi ebyetaaga okukolebwa okulaakulanya Uganda." }, { "english": "There was a presidential rally yesterday.", "luganda": "Wabaddewo kakuyege w'eyesimbyewo ku bukulembeza bw'eggwanga eggulo." }, { "english": "Many presidential candidates have not been nominated.", "luganda": "Abangi ku besimbye ku ky'obukulembeze bw'eggwanga tebawandiisiddwa." }, { "english": "Youth should take up leadership positions as well.", "luganda": "Abavubuka nabo bateekeddwa okutwala ebifo by'obukulembeze." }, { "english": "He was criticized for his bad address during the campaign.", "luganda": "Yakolokoteddwa olw'okwogera obubi mu kunoonya akalulu." }, { "english": "Most youths are ignorant of the country's economy.", "luganda": "Abavubuka bangi tebamanyi ku byanfuna bya ggwanga." }, { "english": "People were advised to join hands to develop the country.", "luganda": "Abantu bakubiriziddwa okukwatira awamu okukulaakulanya eggwanga." }, { "english": "The police engaged in some brutal acts.", "luganda": "Poliisi yenyigidde mu bikolwa by'obukambwe." }, { "english": "They condemned police brutality.", "luganda": "Baavumiridde obukambwe bwa poliisi." }, { "english": "She aired an interesting radio programme.", "luganda": "Omukyala awerezza pulogulamu ya laadiyo enyuma." }, { "english": "The government is accountable to all citizens.", "luganda": "Gavumenti evunaanyizibwa ku bannansi bonna." }, { "english": "Religious leaders should advise political leaders.", "luganda": "Abakulembeze b'ediini balina okuwabula banabyabufuzi." }, { "english": "Democracy levels are decreasing.", "luganda": "Enkola ya demokulasiya esebengerera." }, { "english": "He started up a new business.", "luganda": "Yatandisewo bizinesi empya." }, { "english": "They tried calling him on the phone but he did not answer.", "luganda": "Bagezesaako omukubira ku ssimu nga takwata." }, { "english": "The radio station was put off-air due to some illegal programs aired.", "luganda": "Sitenseni ya laadiyo yajiddwa ku mpewo olw'okubeera ne pulogulamu emenya amateeka." }, { "english": "The youths' workshop was well organised.", "luganda": "Olukungaana lwabavuka olw'okusoma lwategekeddwa bulungi." }, { "english": "The workshop was held for two days.", "luganda": "Olukungaana lwamala ennaku bbiri." }, { "english": "The event had several sponsors.", "luganda": "Omukolo gwabadde n'abategesi bangi." }, { "english": "It was an international conference.", "luganda": "Olukungaana lwabadde lwa mawanga gonna." }, { "english": "The security at the party entrance was really tight.", "luganda": "Obukuumi ku mulyango g'womukolo bwabadde bunywevu." }, { "english": "Attendance was only by invitation.", "luganda": "Olukiiko lwetabibwako abo bokka abayitibwa." }, { "english": "People were advised to carry their identity cards to the workshop.", "luganda": "Abantu bakubirizibwa okujja n'endagamuntu zaabwe mu lukungana." }, { "english": "Ugandans have started engaging in several income-generating activities.", "luganda": "Bannayuganda batandise okwenyigira mu mirimu egyiyingiza ssente." }, { "english": "The partnership will provide employment opportunities to the people.", "luganda": "Omukago gujja kuwa abantu emirimu." }, { "english": "The partnership between Uganda and Germany will encourage research and technology.", "luganda": "Enkolagana ya Uganda ne Bugirimani ejja kubiriza okunoonyereza ne tekinologiya." }, { "english": "The ministry will monitor vaccination against Ebola in West Nile.", "luganda": "Ekitongole kijja kulondoola okugema kwa Ebola mu West Nile." }, { "english": "The vaccination teams will reach Arua in seven days.", "luganda": "Ttiimu ezigema zijja kutuuka mu Arua mu nnaku musanvu." }, { "english": "The vaccination will start with health workers.", "luganda": "Okugema kujja kutandika na basawo." }, { "english": "District officials in West Nile organised a meeting following the ebola outbreak.", "luganda": "Abakungu mu disitulikiti ya West Nile bategese olukiiko lw'okusaasaana kw'obulwadde bwa Ebola." }, { "english": "A lady succumbed to the virus near the Ugandan border.", "luganda": "Omukyala yafunidde akawuka ku nsalo ya Uganda." }, { "english": "Health workers should be vaccinated first because they are more prone to the virus.", "luganda": "Abasawo balina okusooka okugemebwa kubanga be basokerwako akawuka." }, { "english": "The ministry will vaccinate a circle suspected to be having ebola cases.", "luganda": "Ekitongole kijja kugema ekitundu ekiteeberezebwa okuba ne Ebola." }, { "english": "Only contacts of contacts will be vaccinated.", "luganda": "Abo bokka abalina akakwate ku be bajjanjaba be bajja okugemebwa." }, { "english": "Schools and markets should be left open.", "luganda": "Amasomero n'obutale biteekeddwa okusigala nga biggule." }, { "english": "People should be given knowledge and requirements to combat the spread of ebola.", "luganda": "Abantu balina okuwebwa amagezi n'ebyokukozesa ku kulwanyisa okusaasaana kwa Ebola." }, { "english": "There are no border terminals which makes screening difficult.", "luganda": "Tewaliwo miryango ku nsalo ekifuula okukebera ekizibu." }, { "english": "Leaders and people should be sensitized and alerted for immediate response.", "luganda": "Abakulembeze n'abantu balina okutegeezebwa n'okutemezebwako okusobola okudduukirira mangu ." }, { "english": "The ministry declared the country free from ebola after a massive check-up.", "luganda": "Minisitule yalangiridde eggwanga obutaba na bulwadde bwa Ebola oluvanyuma lw'okukebera abangi." }, { "english": "Three people died of Ebola in Kasese.", "luganda": "Abantu basatu bafudde Ebola e Kasese." }, { "english": "Uganda is at risk since there is an ebola outbreak in the neighbouring countries.", "luganda": "Uganda eri ku bwerinde olw'amawanga agagirinaanye okufuna ekirwadde ky'ebola." }, { "english": "The ministry of health has been able to contain the epidemic.", "luganda": "Ekitongole ky'ebyobulamu kisobodde okulwanisa ekitwadde." }, { "english": "The vaccine from the world health organisation is effective though insufficient.", "luganda": "Edagala erigema okuva mu kitongole ky'obulamu eky'ensi yonna lijjanjaba lwakuba terimala." }, { "english": "Arua district lacks finances to prevent the spread of the Ebola virus.", "luganda": "Disitulikiti ya Arua telina nsimbi zimala kutangira kusaasaana kw'akawuka ka Ebola." }, { "english": "The ministry should establish facilities to enable districts to fight disease outbreaks.", "luganda": "Ekitongole kirina okuteekawo ebifo okusobozesa zi disitulikiti okulwanyisa okubalukawo kw'ebirwadde." }, { "english": "The people of Arua are on alert after an ebola outbreak in Congo.", "luganda": "Abantu b'omu Arua bali bulindaala oluvannyuma lwa Ebola okubalukawo mu Congo." }, { "english": "Ebola is a very dangerous disease which can lead to loss of life.", "luganda": "Ebola bulwadde bwa bulabe obusobola okuleetera okufirwa obulamu." }, { "english": "There is compulsory handwashing for everyone who accesses the hospital premises.", "luganda": "Waliwo okunaaba engalo okw'obuwazze ku buli muntu anaayingira mu ddwaliro." }, { "english": "Ugandans should be ready to battle with the ebola outbreak.", "luganda": "Bannayuganda bateekeddwa okuba abeetegefu okulwanisa okubalukawo kwa ebola." }, { "english": "All people leaving and accessing the hospital must wash their hands.", "luganda": "Abantu bonna abafuluma n'abayingira eddwaliro balina okunaaba engalo zaabwe." }, { "english": "The hospital will carry out proper documentation about the patients.", "luganda": "Eddwaliro lijja kuteeka mu buwandiike ebikwata ku balwadde babwe." }, { "english": "The hospital personnel have been equipped with protective equipment to fight off Ebola.", "luganda": "Abakozi b'omu ddwaliro baweereddwa eby'okwekumisa okulwanyisa Ebola." }, { "english": "The hospital management has established simple clinics to manage Ebola cases.", "luganda": "Abaddukanya eddwaliro baateekawo obulwaliro obutono okubayamba okulwanisa Ebola." }, { "english": "Arua district has not succumbed to the Ebola outbreak.", "luganda": "Disitulikiti ya Arua tennabalukamu kirwadde kya Ebora." }, { "english": "People suspected of having Ebola are put in quarantine.", "luganda": "Abantu abasuubirwa okuba ne Ebola batekebwa mu kalantiini." }, { "english": "People have embraced hand washing as a way of stopping the Ebola outbreak.", "luganda": "Abantu baanirizza okunaaba engalo ng'engeri y'okukomya okubalukawo kwa Ebola." }, { "english": "All suspected contacts are traced and quarantined to prevent further spread of ebola.", "luganda": "Abasuubirwa okubeerako n'abaazuulibwamu ebola baalondoddwa ne bateekebwa mu kkalantiini okwewala okusaasaana kwa Ebola." }, { "english": "Ebola brings about high fever bleeding through the ears nose and mouth.", "luganda": "Ebola aleetera omusujja omungi okuvaamu omusaayi mu matu mu nnyindo ne mu kamwa." }, { "english": "Health facilities will be installed to prevent the spread of Ebola in the country.", "luganda": "Ebifo ebijjanjabirwamu bijja kussibwawo okutangira okusaasaana kwa Ebola mu ggwanga." }, { "english": "The country registered three Ebola cases in Kasese.", "luganda": "Eggwanga lyafunye abalwadde ba Ebola basatu e Kasese." }, { "english": "The people travelled to Congo to attend a burial where they succumbed to ebola.", "luganda": "Abantu baagenze e Congo okuziika gye baafunidde obulwadde bwa ebola." }, { "english": "The government will establish new infrastructures in Arua.", "luganda": "Gavumenti ejja kuteekawo ebintu ebigasiza abantu awamu mu Arua." }, { "english": "People will get opportunities to engage in business activities.", "luganda": "Abantu bajja kufuna omukisa okwenyigira mu byobusuubuzi." }, { "english": "People will get capital and increase their income levels.", "luganda": "Abantu bajja kufuna entandikwa bongere ku nnyingiza yaabwe." }, { "english": "People will engage in economic activities which will boost their financial capability.", "luganda": "Abantu bajja kwenyigira mu byobusubuzi ekijja okutumbula obusobozi bwabwe mu byensimbi." }, { "english": "The government has to increase its support towards the refugees.", "luganda": "Gavumenti eyongedde ku buyambi bwayo eri abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "People lack the income to provide for the needs of their children.", "luganda": "Abantu tebalina ssente kutuusa byetaago eri abaana baabwe." }, { "english": "The project will ensure effectiveness in service provision.", "luganda": "Pulojekiti ejja kufaayo ku kutuusa amangu obuweereza." }, { "english": "There is proper documentation for the project beneficiaries.", "luganda": "Waliwo enkuuma ebiwandiiko by'aabagenda okuganyulwa mu pulojekiti." }, { "english": "The government has facilitated the establishment of schools bridges solar panels in Arua.", "luganda": "Gavumenti eyambyeko mu kuzimba amasomero entindo n'amasannyalaze g'enjuba mu Arua." }, { "english": "The government has equipped people with hands-on techniques in stove making.", "luganda": "Gavumenti ewadde abantu eby'okukozesa mu kukola ssigiri nga bakozesa emikono gyabwe." }, { "english": "The project will benefit only the people of West Nile.", "luganda": "Pulojekiti ejja kuganyula bantu bokka ab'omu West Nile." }, { "english": "Four sub-counties in Arua will participate in the project.", "luganda": "Emiruka ena mu Arua gijja kwetaba mu pulojekiti." }, { "english": "The project will enhance agricultural productivity.", "luganda": "Pulojekiti ejja kwongera ku makungula mu byobulimi." }, { "english": "People will improve their standards of living.", "luganda": "Abantu bajja kutumbula embeera z'obulamu bwabwe." }, { "english": "The government has facilitated Arua regional referral hospital with an ambulance.", "luganda": "Gavumenti ewaddeyo emmotoka etambuza abalwadde mu ddwaliro lya Arua regional referral." }, { "english": "The government aims at handling emergency cases in the district.", "luganda": "Gavumenti eruubirira kukwasaganya mu bwangu bantu abali mu mbeera embi mu disitulikiti." }, { "english": "The government has also ensured that refugee-hosting communities have better health services.", "luganda": "Gavumenti efuddeyo n'okulaba nga ebifo ebisengamu abanoonyiboobubudamu biba n'obujjanjabi obulungi." }, { "english": "The ambulance will help refugee communities to have access to better medical services.", "luganda": "Emmotoka etambuza balwadde ejja kuyamba ebitundu ebirimu abanoonyiboobubudamu okufuna ebyobujjanjabi ebirungi." }, { "english": "There will be a reduction in maternal and neonatal rates because of improved medical facilities.", "luganda": "Wajja kubaawo okukendeera ku muwendo gw'abakyala abafiira mu ssanya n'abaana abafa nga baakazaalibwa olw'obujjanjabi obulungi." }, { "english": "Ambulance services should be readily available for the people.", "luganda": "Obuweereza bw'emmotoka ezitambuza balwadde bulina okubeerawo eri abantu." }, { "english": "The ambulance is well equipped with first aid services.", "luganda": "Emmotoka etambuza balwadde ejja kubaamu eddagala eritaakiriza abalwadde." }, { "english": "Uganda has an underdeveloped ambulance system.", "luganda": "Uganda erina enkola y'emmotoka ezitambuza balwadde embi." }, { "english": "The government will provide ambulances countrywide.", "luganda": "Gavumenti ejja kugaba emmotoka ezitambuza balwadde okwetooloola eggwanga lyonna." }, { "english": "Ambulances should be operated by skilled health care practitioners.", "luganda": "Emmotoka etambuza abalwadde erina kuddukanyizibwa omusawo omukugu." }, { "english": "The hospital replaced the old ambulance with the new one.", "luganda": "Eddwaliro lyasikizza emmotoka etambuza abalwadde enkadde n'empya." }, { "english": "Hospitals should be well facilitated to handle all kinds of health issues.", "luganda": "Amalwaliro galina okutekebwatekebwa ebintu okusobola okukola ku ndwadde zonna." }, { "english": "Hospitals lack the income to take ambulances for maintenance.", "luganda": "Amalwaliro tegalina ssente kutwala mmotoka zitambuza balwadde kuddaabirizibwa." }, { "english": "Ambulance services will reduce mortality and maternal cases.", "luganda": "Empereza z'emmotoka ezitambuza abalwadde zijja kukendeeza ku bantu abafa n'abakyala abafa nga bazaala." }, { "english": "The police should arrest all people encroaching on wetlands.", "luganda": "Poliisi erina okukwata abantu bonna abeesenza mu ntobazi." }, { "english": "Human activities alongside the river have affected the river capacity.", "luganda": "Emirimu egikolebwa ku mabbali g'omugga gikoseza entambula y'omugga." }, { "english": "The region has a poor supply of water.", "luganda": "Ekyalo kirina entambula y'amazzi embi." }, { "english": "People have limited access to water services.", "luganda": "Abantu tebalina mazzi gamala." }, { "english": "The people of Arua have shortages in water for domestic use.", "luganda": "Abantu b'omu Arua balina ebbula ly'amazzi g'okukozesa awaka." }, { "english": "People have engaged in business activities alongside the river.", "luganda": "Abantu beenyigidde mu byobusuubuzi ku mabbali g'omugga." }, { "english": "The government should establish strict laws for people encroaching on the wetlands.", "luganda": "Gavumenti erina okuteekawo amateeka amakakali ku bantu abasenga mu ntobazi." }, { "english": "There is flooding along the Osu stream in Arua.", "luganda": "Waliwo amataba ku mugga Osu mu Arua." }, { "english": "People should be sensitized about the importance of wetlands.", "luganda": "Abantu balina okutegeezebwa ku mugaso gw'entobazi." }, { "english": "There is a change in rain patterns because of environmental degradation.", "luganda": "Waliwo enkyukakyuka mu nkuba efunibwa olw'okukozesa obubi obutonde." }, { "english": "National environment management authority should intervene to conserve the wetlands.", "luganda": "Ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw'ensi kirina okuvaayo okutaasa entobazi." }, { "english": "Most of the wetlands in Arua have been encroached on by the people.", "luganda": "Entobazi ezisinga mu Arua zaasengemu abantu." }, { "english": "People connive with leaders to occupy the wetlands.", "luganda": "Abantu beekobaana n'abakulembeze okusenga mu ntobazzi." }, { "english": "Leaders are not concerned about the consistency in environmental degradation.", "luganda": "Abakulembeze tebeefiirayo ku kwonoona obutonde bw'ensi okugenda mu maaso." }, { "english": "Leaders have failed to enforce environmental laws.", "luganda": "Abakulembeze balemereddwa okussa mu nkola amateeka agafuga obutonde." }, { "english": "Some areas have been well protected and conserved.", "luganda": "Ebitundu ebimu bisobodde okukuumibwa n'okulabirirwa obulungi." }, { "english": "Population pressure in the area has brought about the destruction of the wetlands.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu omungi mu kitundu guviiriddeko okusaanyaawo entobazi." }, { "english": "People should desist from buying land in wetlands.", "luganda": "Abantu balina okukomya okugula ettaka mu ntobazi." }, { "english": "Investors are constructing infrastructures in wetlands.", "luganda": "Bamusigansimbi bazimba bizimbe mu ntobazi." }, { "english": "Arua and Koboko established the environmental police to protect and conserve the environment.", "luganda": "Arua ne Koboko zassaawo poliisi y'obutonde okusobola okukuuma n'okulabirira obutonde bw'ensi." }, { "english": "The government will restore the wetlands in Nebbi and Malacha.", "luganda": "Gavumenti yaakununula ntobazi eziri mu Nebbi ne Maracha." }, { "english": "The destruction of the environment affects the ecosystem and water retention.", "luganda": "Okusaanyaawo obutonde bw'ensi kikosa ebintu ebiberamu n'enkuuma y'amazzi." }, { "english": "The ministry of water and environment has preserved over five thousand wetlands.", "luganda": "Ministule y'amazzi n'obutonde bw'ensi ekuumye entobazi ezisoba mu nkumi ettaano." }, { "english": "The government has provided income to facilitate the restoration of wetlands in the country.", "luganda": "Gavumenti ewadde ensimbi ez'okuyambako mu kuzzaawo entobazi mu ggwanga." }, { "english": "There are increasing cases of child neglect in the area.", "luganda": "Emisango gy'obutalabirira baana gyeyongera mu kitundu." }, { "english": "Early marriages are rampant in the area.", "luganda": "Okufumbirwa kw'abaana abato kususse mu kitundu." }, { "english": "Men lack the income to meet the basic needs of their families.", "luganda": "Abasajja tebalina nsimbi kutuukiriza eby'etaago by'amaka gaabwe eby'obulamu obwa bulijjo." }, { "english": "Fathers should get involved in taking care of their homes.", "luganda": "Abaami balina okwenyigira mu kulabirira amaka gaabwe." }, { "english": "Husbands and wives are always having conflicts at home.", "luganda": "Abaami n'abakyala batera okubeera n'obukuubagano mu maka." }, { "english": "There is rampant drug abuse in the district.", "luganda": "Okukozesa ebiragalalagala kussuse mu disitulikiti." }, { "english": "Mothers work hard and forget about their children.", "luganda": "Bamaama bakola nnyo ne beerabira abaana baabwe." }, { "english": "Women drink a lot of alcohol in the area.", "luganda": "Abakazi banywa nnyo omwenge mu kitundu." }, { "english": "Women have neglected their responsibilities at home.", "luganda": "Abakazi basuddewo obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka." }, { "english": "People should avoid drug abuse.", "luganda": "Abantu balina okwewala okukozesa ebiragalalagala." }, { "english": "Fathers should be sensitized on how to help youths engage in useful activities.", "luganda": "Bataata beebalina butya bwe bayinza okuyamaba abavubuka okwenyigira mu bintu ebiyamba." }, { "english": "Alcohol consumption leads to a high rate of domestic violence.", "luganda": "Okunywa omwenge kivaako obutabanguko mu maka obw'ekika ekya waggulu." }, { "english": "He praised his community for being brave.", "luganda": "Yatenderezza abantu b'omu kitundu olw'okuba abavumu." }, { "english": "One community member laughed at his comment.", "luganda": "Omutuuze omu yeesekerera kye yayogera." }, { "english": "They formed a football club in the region.", "luganda": "Baagunjaawo ttiimu y'omupiira gw'ebigere mu kitundu." }, { "english": "There was a football game in Northern Uganda.", "luganda": "Waaliwo omuzannyo gw'omupiira mu bukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "They constructed a football stadium for their fans.", "luganda": "Baazimbira abawagizi baabwe ekisaawe ky'omupiira gw'ebigere." }, { "english": "The football players prepared for the major games.", "luganda": "Abasambi b'omupiira beetegekera emizannyo egy'amaanyi." }, { "english": "The team played against its local rivals.", "luganda": "Ttiimu yazaannya ne zinnaazo ku kyalo bwe ziri ku mbiranye." }, { "english": "The fans cheered their players throughout the game.", "luganda": "Abawagizi baawagira abasambi baabwe okumalako omuzannyo okuggwa." }, { "english": "The players won their first big league.", "luganda": "Abasambi baawangudde liigi yaabwe ennene eyasoose." }, { "english": "The sports journalists were disappointed by the game results.", "luganda": "Bannamawulire abasaka ag'ebyemizannyo beewuunya ebyavudde mu muzannyo." }, { "english": "The players were very happy to play with the national team.", "luganda": "Abasambi baali basanyufu nnyo okuzannya ne ttiimu y'eggwanga." }, { "english": "The country will never forget the cup finals four years ago.", "luganda": "Eggwanga terijja kwerabira luzannya lw'akamalirizo emyaka ena emabega." }, { "english": "The players should stay in their home regions to promote unity.", "luganda": "Abazannyi balina okusigala mu bitundu gye bazaalibwa okusobola okukuuma obumu." }, { "english": "The fans were not contented with the game results.", "luganda": "Abawagizi tebaali bamativu na byava mu muzannyo." }, { "english": "The football lovers encouraged their players during the match.", "luganda": "Abaagazi b'omupiira bazzaamu abazannyi amaanyi ng'omupiira guzannyibwa." }, { "english": "The team lost because it underestimated its opponents.", "luganda": "Ttiimu yawangulwa kubanga yanyoomye b'ezannya nabo." }, { "english": "The football team exited after its first loss.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira yakyamuka oluvannyuma lw'okuwangulwa okwasooka." }, { "english": "The players won because of the confidence of their supporters.", "luganda": "Abasambi baawangula olw'obuvumu bw'abawagizi baayo." }, { "english": "The football fans fundraised for their football team.", "luganda": "Abawagizi b'omupiira baasondera ttiimu yaabwe ey'omupiira." }, { "english": "The regional teams had a friendly match.", "luganda": "Ttiimu eziva mu kitundu zaabadde omupiira gw'omukwano." }, { "english": "The supporters mobilized funds for transport to the game.", "luganda": "Abawagizi baasonda ensimbi z'entambula okugenda okulaba omuzannyo." }, { "english": "The game was interrupted by heavy rains.", "luganda": "Omuzannyo gw'ataataaganyiziddwa enkuba ennyingi." }, { "english": "The football supporters laughed at their opponent's loss.", "luganda": "Abawagizi b'omupiira baasekeredde gwe baazannye naye okuwangulwa." }, { "english": "The region looks forward to more game fixtures.", "luganda": "Ekitundu kyetegekera enzannya endala mu maaso." }, { "english": "The football fans were excited for the team players selected by the coach.", "luganda": "Abawagizi b'omupiira baali bakyamufu olw'abazannyi abaalondebwa omutendesi." }, { "english": "The supporters joined another club because they were disappointed with their team.", "luganda": "Abawagizi beegatta ku ttiimu endala kubanga ttiimu yaabwe yali ebamalamu maanyi." }, { "english": "The club only has renowned football players.", "luganda": "Ttiimu erina bazannyi bamanyifu bokka." }, { "english": "The winning club was advertised in the News.", "luganda": "Ttiimu empanguzi yalangiddwa mu mawulire." }, { "english": "The team only hired male technical staff.", "luganda": "Ttiimu yaleeta abakozi abeekikugu basajja bokka." }, { "english": "They did not add any females to the technical team.", "luganda": "Tebaagatta mukazi yenna ku ttiimu ey'ekikugu." }, { "english": "The deputised officer will work with the human resource officer.", "luganda": "Omumyuka w'omukungu ajja kukola n'avunaanyizibwa ku nsonga z'abakozi." }, { "english": "The different leadership positions will be filled up.", "luganda": "Ebifo by'obukulembeze eby'enjawulo bijja kujjuzibwa." }, { "english": "Two leaders will supervise the construction project.", "luganda": "Abakulembeze babiri bajja kulondoola okuzimbibwa kwa pulojekiti." }, { "english": "The staff said they do not need female staff.", "luganda": "Abakozi baagambye nti tebeetaaga bakozi bakyala." }, { "english": "Girls have a higher school dropout rate compared to the boys.", "luganda": "Abawala bawanduka nnyo mu masomero bw'ogeraageranya ku balenzi." }, { "english": "Women are still encouraged to apply for new posts.", "luganda": "Abakyala bakyakubirizibwa okusaba ebifo ebipya." }, { "english": "The parliament of Uganda finally approved the budget.", "luganda": "Paalamenti ya Uganda kyaddaaki yayisizza embalirira." }, { "english": "More districts will be created in Uganda.", "luganda": "Disitulikiti endala zijja kutondebwawo mu Uganda." }, { "english": "The state minister for local government will be the guest of honour.", "luganda": "Minisita omubeezi owa gavument ez'ebitundu yajja okuba omugenyi omukulu." }, { "english": "The region members are excited about administrative results.", "luganda": "Bammemba b'ekitundu bakyamufu ku biva mu kakiiko ak'oku ntikko." }, { "english": "No one is above the law in Uganda.", "luganda": "Tewali n'omu ali waggulu w'amateeka mu Uganda." }, { "english": "There was no evidence that the minister was under lawful police custody.", "luganda": "Tewaabaddewo bujulizi bwonna nti minisita yabadde mu kaduukulu ka poliisi mu mateeka." }, { "english": "He was arrested because of malicious property damage.", "luganda": "Yakwatiddwa lwa kwonoona bintu." }, { "english": "The accused was taken to a nearby health centre.", "luganda": "Avunaanibwa yatwaliddwa mu ddwaliro eririraanyeewo." }, { "english": "The accused was charged with treason.", "luganda": "Avunaanibwa yaggulwako gwa kulya mu nsi ye lukwe." }, { "english": "The accused claimed he was innocent because there was no evidence.", "luganda": "Avunaanibwa yategeeza nti yali talina musango kubanga tewaaliwo bujulizi." }, { "english": "The accused escaped from the hospital where he was taken for treatment.", "luganda": "Avunaanibwa yatoloka mu ddwaliro gye yali yatwalibwa okujjanjabibwa." }, { "english": "The accused was put in police custody.", "luganda": "Avunaanibwa yateekebwa mu kaduukulu ka poliisi." }, { "english": "The accused requested that his medical bills are paid in full.", "luganda": "Avunaanwa yasabye nti ebisale bye eby'eddwaliro bisasulwe mu bujjuvu." }, { "english": "The suspect was later charged with treason.", "luganda": "Ateeberezebwa oluvannyuma yagguddwako gwa kulya mu nsi ye lukwe." }, { "english": "The accused was granted bail.", "luganda": "Avunaanibwa yateebwa ku kakalu ka kkooti." }, { "english": "He disagreed with the presidential directives.", "luganda": "Teyakkiriziganya na bitagiro bya pulezidenti." }, { "english": "The accused claimed to have been tortured while under police custody.", "luganda": "Avunaanibwa yategeeza nti yatulugunyizibwa nga ali mu kaduukulu ka poliisi." }, { "english": "More police officials were deployed to ensure night security.", "luganda": "Abapoliisi abalala baayiiriddwa okukuuma obutebenkevu ekiro." }, { "english": "The two districts have endless fights due to funds distribution.", "luganda": "Disitulikiti ebbiri ziri mu kulwanagana okutakoma olw'engabanya y'obuyambi." }, { "english": "Nightguards were deployed to improve security.", "luganda": "Abakuumi b'ekiro baayiiriddwa okwongera ku bukuumi." }, { "english": "Residents blamed their leader for poor management.", "luganda": "Abatuuze baanenya omukulembeze waabwe olw'obukulembeze obubi." }, { "english": "He failed to answer questions over the phone.", "luganda": "Yalemererwa okuddamu ebibuuzo ku ssimu." }, { "english": "They received threats from people in the neighbouring district.", "luganda": "Baafuna okutiisibwatiisibwa okuva mu bantu abali mu disitulikiti ebaliraanye." }, { "english": "They were scared of bloodshed because of regional conflicts.", "luganda": "Batya nnyo ekiyiwamusaayi olw'obutakkaanya mu bitundu." }, { "english": "The police were informed about the ongoing threats.", "luganda": "Poliisi yategeezebwako ku kutiisibwatiisibwa okwali kugenda mu maaso." }, { "english": "Residents said the two officers would not provide security.", "luganda": "Abatuuze baagamba nti bapoliisi babiri baali tebasobola kuwa bukuumi." }, { "english": "The police are supposed to handle people's issues.", "luganda": "Abapoliisi bateekeddwa kukola ku nsonga z'abantu." }, { "english": "The police should be provided with timely information on area matters.", "luganda": "Poliisi erina okuweebwa mawulire ensonga y'omu kitundu mu budde." }, { "english": "Community members are advised to report issues to the police.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu bakubirizibwa okuwaaba ensonga ku poliisi." }, { "english": "The border conflicts negatively affect members in the region.", "luganda": "Obukuubagano ku nsalo bukosa abantu mu bitundu." }, { "english": "Members should write their wills before they die.", "luganda": "Abantu balina okuwandiika ebiraamo byabwe nga tebannafa." }, { "english": "The leader was buried that very evening by community members.", "luganda": "Omukulembeze yaziikibwa abantu b'omu kitundu akawungeezi ako ke nnyini." }, { "english": "The old man died of diabetes.", "luganda": "Omusajja omukulu yafa bulwadde bwa ssukaali." }, { "english": "The will helps the deceased's children to share property peacefully.", "luganda": "Ekiraamo kiyamba bamulekwa okugabana eby'obugagga mu mirembe." }, { "english": "He educated the mourners on the importance of will writing.", "luganda": "Yasomesa abakungubazi ku mugaso gw'okuwandiika eddaame." }, { "english": "The testament will prevent unnecessary issues amongst family members.", "luganda": "Ekiraamo kijja kuziyiza ensonga eziteetaagisa mu booluganda." }, { "english": "He advised community members to live a peaceful life while on earth.", "luganda": "Yakubirizza abantu b'omu kitundu okubeera mu mirembe nga bali ku nsi." }, { "english": "We shall all stand before God one day.", "luganda": "Ffenna tujja kuyimiria mu maaso ga Katonda olunaku olumu." }, { "english": "The deceased was a football coach in his district.", "luganda": "Omugenzi yabadde mutendesi wa mupiira mu disitulikiti ye." }, { "english": "As a coach his team won various games.", "luganda": "Ng'omutendesi ttiimu ye yawangula emizannyo egy'enjawulo." }, { "english": "The deceased left a widow and twelve children.", "luganda": "Omugenzi yaleka nnamwandu ne bamulekwa kkumi na babiri." }, { "english": "The society will pray for the deceased for three days.", "luganda": "Abantu bajja kusabira omugenzi okumala ennaku ssatu." }, { "english": "The prayers will start in June.", "luganda": "Okusaba kujja kutandika mu gwomukaaga." }, { "english": "The government created a new district from an already existing one.", "luganda": "Gavumenti yatonzeewo disitulikiti empya okuva mw'ezo ezibaddewo." }, { "english": "The district prayers will start the following week.", "luganda": "Okusaba kwa disitulikiti kujja kutandika wiiki ejja." }, { "english": "They were advised to pray for a peaceful community.", "luganda": "Bakubiriziddwa okusabira ekitundu kibeere kya mirembe." }, { "english": "They will also pray against corruption.", "luganda": "Bajja era na kusabira okukomya obuli bw'enguzi." }, { "english": "The leader organized for the district prayer.", "luganda": "Omukulembeze yategese okusaba kwa disitulikiti." }, { "english": "Leaders are advised to stay away from corruption.", "luganda": "Abakulembeze baweebwa amagezi okwewala obuli bw'enguzi." }, { "english": "The First lady will be the event's guest of honour.", "luganda": "Omukyala w'omukulembeze w'eggwanga y'ajja okuba omugenyi omukulu ku mukolo." }, { "english": "Political leaders will grace the occasion.", "luganda": "Bannabyabufuzi bajja kubaawo ku mukolo." }, { "english": "A new archbishop will be appointed next year.", "luganda": "Ssaabasumba omuggya ajja kulondebwa omwaka ogujja." }, { "english": "The old archbishop will give his speech at the farewell event.", "luganda": "Ssaabasumba omukadde ajja kuwa okwogera kwe ku mukolo ogusiibula." }, { "english": "The leaders retire at sixty-five years of age.", "luganda": "Abakulembeze bawummulira ku myaka nkaaga mu mukaaga egy'obukulu." }, { "english": "He once served as a missionary at the age of nineteen.", "luganda": "Yaweerezaako ng'omuminsani nga wa myaka kkumi na mwenda." }, { "english": "His biggest achievements will be remembered.", "luganda": "Ebintu by'atuuseeko ebinene bijja kujjukirwa." }, { "english": "He preached against human trafficking in his community.", "luganda": "Yasomesezza ku kiwambabantu mu kitundu kye." }, { "english": "He also preached against gender-based violence in the community.", "luganda": "Yasomesezza ne ku butabanguko obwesigamiziddwa ku kikula mu kitundu." }, { "english": "Men should never lay their hands on a woman.", "luganda": "Abasajja tebalina kusabiriza bakazi." }, { "english": "Gender-based violence a very ancient practice.", "luganda": "Obutabanguko obwesigamiziddwa ku kikula kikolwa kya dda." }, { "english": "The community should fight against gender-based violence.", "luganda": "Ekitundu kirina okulwanyisa obutabanguko obwesigamiziddwa ku kikula." }, { "english": "Young girls should stay in school to avoid teenage pregnancies.", "luganda": "Abawala abato balina okubeera mu ssomero beewale embuto z'ekibubuka." }, { "english": "Report gender violence the authorities.", "luganda": "Loopa obutabanguko obwesigamiziddwa ku kikula eri ab'obuyinza." }, { "english": "It would be wise for one to quit an abusive relationship.", "luganda": "Kyandibadde kya magezi omuntu okuva mu mukwano ogutaliimu nsa." }, { "english": "The campaign was aimed at benefiting the poor.", "luganda": "Kakuyege yaluubirira kuganyula baavu." }, { "english": "The government collects feedback from the opinions of community members.", "luganda": "Gavumenti ekungaanya obubaka okuva mu ndowooza z'abantu mu kitundu." }, { "english": "Market people usually use bitter words.", "luganda": "Abantu b'omu katale batera okukozesa ebigambo ebibi." }, { "english": "Men must work hard to support their families financially.", "luganda": "Abaami balina okukola ennyo okuyimirizaawo amaka gaabwe mu by'enfuna." }, { "english": "Some traditional norms oppress the female gender.", "luganda": "Ennono z'obuwangwa ezimu zinyigiriza ekitonde ekikyala." }, { "english": "Culture guides people to live morally upright.", "luganda": "Obuwangwa bulambika abantu okubeera n'empisa ennungi." }, { "english": "Many dark-skinned women are bleaching their skins of late.", "luganda": "Abakyala abaddugavu bangi beeyerusa ensangi zino." }, { "english": "Marriages are breaking due to various things.", "luganda": "Obufumbo busasika olw'ebintu eby'enjawulo." }, { "english": "Marriage holy and acceptable before God", "luganda": "Obufumbo butukuvu era bukkirizibwa mu maaso ga Katonda." }, { "english": "Husbands and wives should forgive each other's mistakes.", "luganda": "Abaami n'abakyala balina okusonyiwagana mu nsobi." }, { "english": "Why is it so difficult for some people to forgive others?", "luganda": "Lwaki kizibu nnyo abantu abamu okusonyiwa abalala?" }, { "english": "Couples must aim towards working and supporting each other.", "luganda": "Abaagalana balina okuluubirira okukola n'okuyambagana." }, { "english": "Women tend to hide their finances from their husbands.", "luganda": "Abakyala bamanyi okukweka abaami ensimbi zaabwe." }, { "english": "Taxes lead to an increased cost of living.", "luganda": "Emisolo giviirako ebintu by'omu bulamu obwa bulijjo okubeera eby'ebbeeyi." }, { "english": "Using mobile money people can now settle payment transactions on the phone.", "luganda": "Abantu kati basobola okusasula ebintu ku ssimu nga bakozesa mobayiro mmane." }, { "english": "When a tax is imposed on a product its cost rises.", "luganda": "Omusolo bwe guteekebwa ku kintu omuwendo gwakyo gulinnya." }, { "english": "Business people should have good marketing skills.", "luganda": "Abasuubuzi balina okuba n'obukodyo bw'okutunda obulungi." }, { "english": "Different factors influence the cost of the product.", "luganda": "Ensonga ez'enjawulo zisinziirako omuwendo gw'ekintu." }, { "english": "Renewable energy is collected from renewable resources.", "luganda": "Amasannyalaze agasobola okuddamu okukozesebwa gaggyibwa mu bintu ebisobola okuddamu okweyambisibwa." }, { "english": "Cookstoves and biogas are used for cooking.", "luganda": "Essigiri n'omukka oguva mu nnakavundira by'eyambisibwa mu kufumba." }, { "english": "How can a company market its products?", "luganda": "Kampuni eyinza kutunda etya ebintu byayo?" }, { "english": "Solar products are relatively costly.", "luganda": "Ebintu by'amaanyi g'enjuba bya buseere mu." }, { "english": "How can the user identify a fake solar product?", "luganda": "Omuntu akozesa ekintu ekikozesa amaanyi g'enjuba ayinza atya okuzuula ekicupule?" }, { "english": "Entrepreneurs are risk-takers.", "luganda": "Abantu abatondawo emirimu tebatya kufiirwa." }, { "english": "A widened customer base leads to business growth.", "luganda": "Okuba n'abaguzi abawera kyongera ku kukula kwa bizinensi." }, { "english": "Skills can be trained or acquired.", "luganda": "Obukugu buyinza okutendekebwa oba okufunibwa." }, { "english": "Ceremonies usually host a special guest among other guests.", "luganda": "Emikolo emirundi egisinga gikyaza omugenyi omusukkulumu ku balala." }, { "english": "Dinners are usually evening events.", "luganda": "Okulya ekyeggulo kutera kubaawo kawungeezi." }, { "english": "What should the government do to raise education standards?", "luganda": "Gavumenti eteekeddwa kukola ki okusitula omutindo gw'ebyensoma?" }, { "english": "Students are sponsored for education by their parents or guardians.", "luganda": "Abayizi baweererwa bazadde baabwe oba bakiyambi." }, { "english": "When and under what conditions should one address the press?", "luganda": "Ddi era bukwakkulizo ki omuntu mwateekeddwa okwogerako eri bannamawulire?" }, { "english": "Schools must give career guidance services to students.", "luganda": "Amasomero galina okulambika obulungi abayizi ku masomo agabatuusa ku bye baagala okubeera." }, { "english": "He successfully finished his degree under the sponsorship of the trust.", "luganda": "Yamalirizza bulungi ddigiri ye nga ayambibwako abalala." }, { "english": "Bright students from a vulnerable background have won themselves a sponsorship.", "luganda": "Abayizi abagezi okuva mu ffamire enjavu basobodde okwefunira sikaala." }, { "english": "Fewer girls can complete school compared to boys.", "luganda": "Abawala batono abayinza okumalako okusoma bwogeraageranya n'abalenzi." }, { "english": "Sciences are assumed to be difficult studies.", "luganda": "Amasomo ga ssaayansi gatwalibwa okuba amasomo amakalubo." }, { "english": "Choose what you need and leave the rest.", "luganda": "Londako ky'oyagala ebirala obireke." }, { "english": "Education should be given priority.", "luganda": "Eby'enjigiriza biteekeddwa okuba ku mwanjo." }, { "english": "With all the effort they put in they managed to raise all the required funds.", "luganda": "Olw'amaanyi gonna gebassaamu baasobola okukungaanya ensimbi zonna ezaali zeetaagibwa." }, { "english": "Helping others is very important.", "luganda": "Kya mugaso okuyamba abalala." }, { "english": "Some hotels are very expensive.", "luganda": "Wooteeri ezimu za bbeeyi." }, { "english": "We have to come up with solutions to overcome gender-based violence in homes.", "luganda": "Tulina okuvaayo n'ebisola okukolebwa okusobola okugonjoola obutakkaanya mu nkula y'abantu mu maka." }, { "english": "Human rights are for both genders.", "luganda": "Eddembe ly'obuntu lya buli kikula Kya muntu." }, { "english": "What strategies have been laid to stop gender-based violence?", "luganda": "Nteekateeka ki eziteekeddwawo okusobola okukomya obutakkaanya mu kikula ky'abantu?" }, { "english": "What should we do to nurture the environment?", "luganda": "Tuyinza kukola ki okusobola okulabirira obutonde bw'ensi?" }, { "english": "Some cultural norms are oppressive.", "luganda": "Eby'obuwangwa ebimu binyigiriza." }, { "english": "Gender-based violence leads to depression of the affected parties.", "luganda": "Okutulugunyizibwa mu kikula ky'abantu kiviirako abatulugunyiziddwa okunakuwala n'okuggwamu essuubi." }, { "english": "What has been done to fight against Gender-Based violence?", "luganda": "Kiki ekikoleddwa okusobola okulwanyisa obutabanguko obw'ekikula ky'abantu." }, { "english": "Violence is unacceptable in society.", "luganda": "Obutabanguko tebukkirizibwa mu bitundu." }, { "english": "Commitment takes determination and sacrifice.", "luganda": "Okwewaayo kutwala omumalirivu n'okwefiiriza." }, { "english": "What is the role of the church?", "luganda": "Mugaso ki ogw'ekkanisa?" }, { "english": "The blame game never solves anything.", "luganda": "Okunenyagana tekigonjoola kintu kyonna." }, { "english": "Church leaders should encourage people to live peacefully.", "luganda": "Abakulembeze mu kkanisa bateekeddwa okukubiriza abantu okubeera mu ddembe." }, { "english": "Spouses should work together.", "luganda": "Abaagalana bateekeddwa okukolera awamu." }, { "english": "What are some of the problems faced by society today?", "luganda": "Buzibu ki abantu bwe basanga leero?" }, { "english": "Maternal health is the health of women during pregnancy.", "luganda": "Obujjanjabi buweebwa agenda okuzaala ye ndabirira eweebwa omukyala nga ali lubuto." }, { "english": "Some pregnant women die while giving birth.", "luganda": "Abakyala abamu bafiira mu ssanya." }, { "english": "Most men these days are running away from family responsibilities.", "luganda": "Abasajja abasinga ensagi zino badduka obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka." }, { "english": "Adultery has caused most marriages to break.", "luganda": "Obwenzi buviiriddeko obufumbo obusinga okusasika." }, { "english": "Men are advised to take care of their wives during pregnancy.", "luganda": "Abasajja bakubirizibwa okulabirira bakyala baabwe nga bali mbuto." }, { "english": "His wife was delivered from Mulago hospital.", "luganda": "Mukyala we yazaalira mu ddwaliro ly'e Mulago." }, { "english": "Midwives assist women while giving birth.", "luganda": "Abazaalisa bayamba ku bakyala mu budde bw'okuzaala." }, { "english": "Women please be content with what you have.", "luganda": "Abakyala bambi mubeere bamativu n'ekyo kye mulina." }, { "english": "Pregnant mothers are encouraged to visit the hospital before birth time.", "luganda": "Abakyala abali embuto bakubirizibwa okugendanga mu ddwaliro nga tebannatuusa kuzaala." }, { "english": "Women ought to maintain personal hygiene.", "luganda": "Abakyala basuubirwa okukuuma obuyonjo." }, { "english": "Early pregnancies are dangerous to the health of the young girl.", "luganda": "Okufa olubuto nga okyali muto kya bulabe eri obulamu bw'omwana omuwala." }, { "english": "Women are not great time managers.", "luganda": "Abakazi si balungi mu kukwata obudde." }, { "english": "What is the purpose of the great refugee run?", "luganda": "Mugaso ki oguli mu kudduka olw'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "Annual events are carried out annually.", "luganda": "Emikolo gy'omwaka gikolebwa buli mwaka." }, { "english": "Refugees usually settle in refugee camps.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu basenga mu nkambi z'abanoonyiboobubudamu" }, { "english": "Why is the world refugee day celebrated?", "luganda": "Lwaki olunaku lw'abanoonyiboobubudamu lukuzibwa mu nsi yonna." }, { "english": "Athletes are all over the world.", "luganda": "Abaddusi bajjudde okwetooloola ensi yonna." }, { "english": "Running is a form of body exercise.", "luganda": "Okudduka kimu ku ngeri y'okukozesaamu omubiri" }, { "english": "A lot of games are available for people to play.", "luganda": "Emizannyo weegiri mingi nnyo abantu gye basobola okuzannya." }, { "english": "People with disabilities must be treated equally as others.", "luganda": "Abantu abaliko obulemu balina okuyisibwa kyenkanyi ng'abalala." }, { "english": "Some people are not aware of their talents.", "luganda": "Abantu abamu tebamanyi bitone byabwe." }, { "english": "Talents are nurtured and they grow with continued practice.", "luganda": "Ebitone bikulaakulanyizibwa era ne bikula nga weegezaamu entakera." }, { "english": "An athlete is a person proficient in sports.", "luganda": "Omuddusi ye muntu omukugu mu byemizannyo." }, { "english": "Health runs are organised for fundraising purposes.", "luganda": "Emisinde gy'okukuuma obulamu gitegekebwa n'ebigendererwa bya kusonda nsimbi." }, { "english": "Inspirations are a source of hope.", "luganda": "Okuzzaamu amaanyi kkubo erizzaamu essuubi." }, { "english": "The emergency phase was a stressful one.", "luganda": "Akaseera k'akazigizigi kaali keeraliikiriza." }, { "english": "Online courses are more convenient.", "luganda": "Okusomera ku mutimbagano kwanguwa nnyo." }, { "english": "Refugees are natives of other countries.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu bantu abava mu nsi endala." }, { "english": "Humanitarians are concerned with promoting human welfare.", "luganda": "Abayambi b'abantu bafaayo ku kutumbula obulamu bw'abantu." }, { "english": "Floods displaced people during the rainy season.", "luganda": "Amataba gaasengula abantu mu biseera by'enkuba." }, { "english": "It is the role of government to keep its citizens secure.", "luganda": "Mulimu gwa gavumenti okukuuma abantu baayo nga batebenkevu." }, { "english": "Refugees need to feel secure in the host country.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu beetaaga okuwulira nga batebenkevu mu nsi ebabudamizza." }, { "english": "Which organisations are licensed to carry out legal aid services in Uganda?", "luganda": "Bitongole ki ebirina olukusa okuddukanya eby'amateeka mu Uganda?" }, { "english": "The United Nations has some of its offices operating in Uganda.", "luganda": "Ekibiina ky'amawanga amagatte kirina woofiises zaakyo ezikolera mu Uganda." }, { "english": "A report must reflect the right information.", "luganda": "Alipoota erina okuggyayo obubaka obutuufu." }, { "english": "They implemented the ideas as shared by the members of the society.", "luganda": "Baateeka mu nkola ebirowoozo nga bwe ebyateesebwa abatuuze b'omu kitundu." }, { "english": "Reports are very informative.", "luganda": "Alipoota ziyigiriza nnyo." }, { "english": "A report is like a form of written feedback.", "luganda": "Alipoota eringa engeri y'okuddibwamu empandike." }, { "english": "Police serve members of the public as well as the nation at large.", "luganda": "Poliisi eweereza abantu b'omu kitundu n'eggwanga lyonna okutwalira awamu." }, { "english": "Victims of violence need assistance through counselling sessions.", "luganda": "Abantu abatulugunyiziddwa beetaaga obuyambi nga babudaabudibwa." }, { "english": "Judges magistrates and others are some of the judicial officers in Uganda.", "luganda": "Abalamuzi abalamu ba kkooti ento n'abalala be bamu ku bannamateeka mu Uganda." }, { "english": "Corruption is a hindrance to development.", "luganda": "Enguzi muziziko eri enkulaakulana." }, { "english": "Uganda receives international aid for other countries.", "luganda": "Uganda efuna obuyambi okuva mu nsi endala." }, { "english": "The roads connecting those areas are full of pole holes.", "luganda": "Enguudo ezigatta ebitundu ebyo zijjudde ebinnya." }, { "english": "Traditionally men are superior to women.", "luganda": "Mu buwangwa abasajja basinga ku bakazi." }, { "english": "Violence against women is increasing in Africa.", "luganda": "Okutulugunya abakyala kyeyongera Afirika." }, { "english": "Culture has affected gender inequality in Africa.", "luganda": "Obuwangwa buleeseewo obutali bwenkanya mu kikula mu Afirika" }, { "english": "It is dishonorable to report your husband to the police.", "luganda": "Kiweebuula okuloopa bbaawo ku poliisi." }, { "english": "Health care services enable women to go through pregnancy and childbirth safely.", "luganda": "Ebyobulamu ebirungi biyamba abakyala okuyita obulungi mu biseera nga bali mbuto n'okuzaala obulungi." }, { "english": "The organization focuses on fighting the rights of women with children.", "luganda": "Ekitongole essira kirissa ku kulwanirira eddembe ly'abakyala abalina abaana." }, { "english": "Gender inequality is high in the remote places of Africa.", "luganda": "Obutali bwenkanya mu kikula kuli waggulu mu bitundu by'omu byalo." }, { "english": "Clan leaders take advantage of women even when the men are wrong.", "luganda": "Abakulu b'ebika banenya abakazi ne bwe kiba nga abasajja be bali mu nsobi." }, { "english": "Violence majorly affects women and girls.", "luganda": "Obutabanguko businga kukosa bakyala na bawala." }, { "english": "Every day there are cases of domestic violence reported at police.", "luganda": "Buli lunaku wabaawo emisango gy'obutabanguko mu maka egiroopebwa ku poliisi." }, { "english": "Village elders are called upon to sensitize people to stop this violence.", "luganda": "Abataka b'oku byalo basabibwa okuvaayo bamanyise abantu ku okukomya obutabanguko buno." }, { "english": "The group which raped the young girl to death has been arrested.", "luganda": "Ekibinja ekyasobezza ku muwala omuto okutuusa lwe yafudde kikwatiddwa." }, { "english": "Drug abuse and addiction affect the community.", "luganda": "Okukozesa ebiragalalagala n'okubyemanyiiza kikosa ekitundu." }, { "english": "Violence can be prevented right from the grass root.", "luganda": "Obutabanguko basobola okutangirwa okuviira ddala wansi." }, { "english": "The organization is helping its members to improve their rural livelihood.", "luganda": "Ekitongole kiyamba bammemba baakyo okutumbula obulamu bwabwe mu byalo." }, { "english": "Trees provide food and homes for many birds.", "luganda": "Emiti giwa ebinyonyi bingi emmere n'awokusula." }, { "english": "The organization is working hand in hand with the church and educational sectors.", "luganda": "Ekitongole kikolera wamu n'ekkanisa n'ekitongole ky'ebyenjigiriza." }, { "english": "The church has greatly motivated people to plant trees.", "luganda": "Ekkanisa eyagazizza nnyo abantu okusimba emiti." }, { "english": "It is only us the community who can implement tree planting.", "luganda": "Ffe ffekka abasobola okuteeka mu nkola okusimba emiti." }, { "english": "Soil erosion decreases soil fertility.", "luganda": "Okukulugguka kw'ettaka kukeendeeza obugimu bw'ettaka." }, { "english": "The community is encouraged to plant trees on unused farmland.", "luganda": "Abantu bakubirizibwa okusimba emiti ku ttaka eritakozesebwa." }, { "english": "The Bishop urged the church to collaborate with organizations planting trees.", "luganda": "Omwepiskoopi yasabye ekkanisa okukolagana n'ebitongole ebisimba emiti." }, { "english": "Students from different educational institutions have taken part in tree planting.", "luganda": "Abayizi okuva mu matendekero ag'enjawulo beenyigidde mu kusimba emiti." }, { "english": "The tree seedlings were distributed among two secondary schools.", "luganda": "Endokwa z'emiti zaagabiddwa mu masomero ga sekendule." }, { "english": "The church is responsible for monitoring tree planting.", "luganda": "Ekkanisa evunaanyizibwa okulondoola okusimba emiti." }, { "english": "The police didn't present the warrant of arrest.", "luganda": "Poliisi teyalaze kiwandiiko kigiragira okukwata omuntu." }, { "english": "Everyone has a right to access a lawyer.", "luganda": "Buli omu alina eddembe okulaba munnamateeka." }, { "english": "They failed to produce evidence before the court that he committed the crime.", "luganda": "Baalemererwa okuwa obujulizi eri kkooti obulaga nti yazza omusango." }, { "english": "Police officers kidnapped him.", "luganda": "Abapoliisi baamubuzaawo." }, { "english": "The twenty-year-old was arrested for stoning the Minister's car.", "luganda": "Ow'emyaka amakumi abiri yakwatiddwa lwa kukuba mmotoka ya minisita jjinja." }, { "english": "The president appreciated the special force for keeping peace and security.", "luganda": "Pulezidenti yasiima abasirikale bamukuuma okukuuma emirembe n'ebyokwerinda." }, { "english": "They failed to identify the people who stoned the car.", "luganda": "Baalemererwa okuzuula abantu abaakuba emmotoka amayinja." }, { "english": "The commanders were remanded in the army court.", "luganda": "Abaakikuliramu baatwaliddwa mu kkooti y'amagye." }, { "english": "He apologized to him for being arrested mercilessly.", "luganda": "Yamwetondera olw'okumukwata mu bukambwe." }, { "english": "His arrest was unlawful because he had not committed any crime.", "luganda": "Okukwatibwa kwe tekwali mu mateeka yali tazzizza musango." }, { "english": "The identity of the men who arrested him is not known.", "luganda": "Ekikula ky'abasajja abaamukutte tekimanyiddwa." }, { "english": "She left the hospital without the knowledge of the officials.", "luganda": "Yava mu ddwaliro nga abalitwala tebakimanyiiko." }, { "english": "There is no evidence to show that he committed the offence.", "luganda": "Tewali bujulizi bulaga nti yazza omusango." }, { "english": "The proceedings have been postponed until next week.", "luganda": "Okuwulira omusango kwongezeddwayo okutuusa wiiki ejja." }, { "english": "The government has put four billion into the construction of roads in the East.", "luganda": "Gavumenti etadde obuse buna mu kuzimba oluguudo mu buvanjuba." }, { "english": "The project was launched yesterday at the district headquarters.", "luganda": "Pulojekiti yatongozeddwa eggulo ku kitebe kya disitulikiti." }, { "english": "It will improve the standards of living of the people in the northern region.", "luganda": "Kijja kutumbula omutindo gw'obulamu bw'abantu mu bitundu by'obukiikakkono." }, { "english": "It is to help the development of better quality services.", "luganda": "Kya kuyamba ku kutumbula empeereza ey'omutindo ennungi." }, { "english": "The government will work with various organizations to develop the northern region.", "luganda": "Gavumenti ejja kukolera n'ebitongole eby'enjawulo okukulaakulanya ebitundu by'obukiikakkono." }, { "english": "Some district officials mismanage government funds.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti abamu bakozesa bubi ensimbi za gavumenti." }, { "english": "He had a meeting with the people he expected to give the contracts.", "luganda": "Yabadde n'olukiiko n'abantu b'asuubira okuwa endagaano." }, { "english": "Organizations have to work together during project implementation.", "luganda": "Ebitongole birina okukolera awamu mu kuteekesa pulojekiti mu nkola." }, { "english": "Projects should focus on implementing new solutions.", "luganda": "Pulojekiti essirira zirina kuliteeka ku kussaawo bintu bipya." }, { "english": "Government has put efforts into developing Northern Uganda.", "luganda": "Gavumenti etadde amaanyi mu kukulaakulanya ekitundu ky'obukiikakkono." }, { "english": "New roads have been constructed in many districts this year.", "luganda": "Enguudo empya zizimbiddwa mu disitulikiti nnyingi omwaka guno." }, { "english": "Many people lose their lives and properties due to wars.", "luganda": "Abantu bangi bafiirwa obulamu bwabwe mu ntalo." }, { "english": "The northern part of Uganda has a strong culture in cattle rearing.", "luganda": "Ekitundu ky'obukiikakkono kya Uganda kirunda nnyo ente." }, { "english": "The new hospital is going to improve health services in the region.", "luganda": "Eddwaliro eppya ligenda kutumbula ebyobulamu mu kitundu." }, { "english": "Our district medical services are too low as compared to other places.", "luganda": "Ebyobujjanjabi ku disitulikiti yaffe bitono nnyo bw'ogeraageranya ebifo ebirala." }, { "english": "It is going to be the biggest hospital in the northern region.", "luganda": "Lye ligenda okuba eddwaliro erisinga obunene mu kitundu ky'obukiikakkono." }, { "english": "Residents from nearby districts will also come here for treatment.", "luganda": "Abantu mu disitulikiti eziriraanyeewo nabo bajja kujja wano bafune obujjanjabi." }, { "english": "The construction is expected to take two years.", "luganda": "Okuzimba kusuubirwa okumala myaka ebiri." }, { "english": "The number of health workers has increased compared to previous years.", "luganda": "Omuwendo gw'abasawo gweyongedde bw'ogeraageranya n'emyaka egiyise." }, { "english": "A good medical centre should provide all services required by patients.", "luganda": "Eddwaliro eddungi lirina okuba n'obuweereza bwonna obwetaagibwa abalwadde." }, { "english": "Many black doctors are better than white doctors.", "luganda": "Abasawo abaddugavu bangi basinga abeeru." }, { "english": "There are few hospitals for people with mental illnesses in Uganda.", "luganda": "Amalwaliro g'abantu abalina obuzibu ku mitwe matono nnyo mu Uganda." }, { "english": "The ministry has established health centres everywhere in the country.", "luganda": "Minisitule etadde amalwaliro buli wamu mu ggwanga." }, { "english": "The chairperson has offered his land to construct a health centre.", "luganda": "Ssentebe awaddeyo ettaka lye kuzimbibweko eddwaliro." }, { "english": "People are happy with the government's efforts in improving health care services in Uganda.", "luganda": "Abantu basanyufu ne kaweefube wa gavumenti okutumbula ebyobulamu mu Uganda" }, { "english": "Religious organizations have established many hospitals with quality services across the country.", "luganda": "Ebitongole by'enzikiriza bizimbye amalwaliro mangi agalimu obuweereza obw'omutindo okwetooloola eggwanga." }, { "english": "The presence of health centres in an area improves people's quality of life.", "luganda": "Okubaawo kw'amalwaliro mu kitundu kyongera mutindo gw'obulamu bw'abantu." }, { "english": "Some pharmacies sell expired drugs to patients.", "luganda": "Amatundiro g'eddagala agamu gaguza abalwadde eddagala eriyiseeko." }, { "english": "Many patients lose their lives due to the absence of blood in the hospital.", "luganda": "Abalwadde bangi bafiirwa obulamu bwabwe olw'obutabaawo bwa musaayi mu ddwaliro." }, { "english": "Victims of the road are at a high risk of losing too much blood.", "luganda": "Abagwa ku bubenje ku nguudo babeera mu katyabaga ka maanyi okuvaamu omusaayi omungi." }, { "english": "The leader has called upon people to donate blood to save lives.", "luganda": "Omukulembeze akunze abantu okugaba omusaayi okutaasa obulamu." }, { "english": "It needs a stand by vehicles for transporting blood whenever it's required.", "luganda": "Kyetaagisa emmotoka eziba obulindaala okutambuza omusaayi buli we kyetaagisiza." }, { "english": "The national blood bank collects a thousand units of blood from people annually.", "luganda": "Etterekero ly'omusaayi ekkulu likungaanya yuniti z'omusaayi eziri mu nkumbi okuva mu bantu buli mwaka." }, { "english": "During labour some women need enough blood before and after delivery.", "luganda": "Mu k'okuzaala abakyala abamu beetaaga omusaayi ogumala nga tebannaba oba nga bamaze okuzaala." }, { "english": "Some health service providers exploit people in various ways.", "luganda": "Abasawo abamu banyigiriza abantu mu ngeri ez'enjawulo." }, { "english": "Female doctors are sometimes poorly handled by unprofessional male doctors.", "luganda": "Abasawo abakyala ebiseera ebimu bakwatibwa bubi abasawo abaami abatalina bukugu." }, { "english": "Majority of heart complications in Uganda are referred to other countries.", "luganda": "Abantu abalina obuzibu ku mitima mu Uganda ebiseera ebisinga basindikibwa mu nsi ndala." }, { "english": "Blood donors find it easier to get transfusion services when the need arises.", "luganda": "Abagabi b'omusaayi bakisanga nga kyangu okufuna omusaayi singa obwetaavu buba buzze." }, { "english": "Blood donation relieves the body from excess blood and keeps it healthy.", "luganda": "Okugaba omusaayi kikendeeza ku bungi bw'omusaayi mu mubiri era kigukuuma nga mulamu." }, { "english": "It is important to have blood storage centres in all districts across the country.", "luganda": "Kya mugaso okubeera n'amaterekero g'omusaayi mu disitulikiti zonna okwetooloola eggwanga." }, { "english": "A blood storage facility requires a huge sum of money to be established.", "luganda": "Etterekero ly'omusaayi lyetaagisa ensimbi nnyingi nnyo okuteekebwawo." }, { "english": "Cultural leaders in Uganda have greatly supported the health sector in various ways.", "luganda": "Abakulembeze b'ennono mu Uganda eyambye nnyo ekitongole ky'ebyobulamu mu ngeri ez'enjawulo." }, { "english": "Non-government organizations are involved in improving medical services.", "luganda": "Ebitongole by'obwannakyewa byenyigira mu kutumbula eby'obujjanjabi." }, { "english": "Having enough blood in the body helps it to function well.", "luganda": "Okubeera n'omusaayi ogumala mu mubiri kiguyamba okukola obulungi." }, { "english": "The district health officer advised people to observe proper hygiene at all times.", "luganda": "Akulira ebyobulamu ku disitulikiti yakubirizza abantu okubeera abayonjo buli kiseera." }, { "english": "Government Ministers in Uganda are well paid compared to other civil servants.", "luganda": "Baminisita ba gavumenti mu Uganda basasulwa bulungi okusinga abakozi ba gavumenti abalala." }, { "english": "Some people engage in politics for money but not to serve.", "luganda": "Abantu abamu beenyigira mu byobufuzi lwa nsimbi naye si kuweereza." }, { "english": "The national budget should always focus on key issues affecting the nationals.", "luganda": "Embalirira y'eggwanga bulijjo erina okuteeka essira ku nsonga ezinyiga abantu." }, { "english": "The educational services in the northern region are still low compared to others.", "luganda": "Ebyensoma mu kitundu ky'obukiikakkono bikyali wansi bw'ogeraageranya ku birala." }, { "english": "Government has promised to increase teachers' salaries next year.", "luganda": "Gavumenti esuubizza okwongeza omusaala gw'abasomesa omwaka ogujja" }, { "english": "Members of parliament receive many allowances from the ministry of finance annually.", "luganda": "Ababaka ba paalamenti bafuna obusiimo bungi okuva mu minisitule y'ebyensimbi buli mwaka." }, { "english": "Judges are the highest-paid civil servants in the country.", "luganda": "Abalamuzi be bakozi ba gavumenti abasinga okusasulwa mu ggwanga." }, { "english": "Leaders are not happy with the way people are opposing their salary proposal.", "luganda": "Abakulembeze si basanyufu n'engeri abantu gye wakanyaamu engereka y'omusaala gwabwe." }, { "english": "Local service leaders have started receiving monthly salaries from the government than before.", "luganda": "Abakulembeze b'ebyalo batandise okufuna omusaala okuva mu gavumenti buli mwezi ekitabaddeewo." }, { "english": "There is a concern that elected leaders rarely come back to the people they represent.", "luganda": "Waliwo ensonga nti abakulembeze abalondebwa tebatera kudda mu bantu be bakiikirira." }, { "english": "Teachers are among the lowest civil servants in Uganda.", "luganda": "Abasomesa be bamu ku bakozi ba gavumenti abasinga okusasulwa ekitono mu Uganda." }, { "english": "There are many communication companies in Uganda.", "luganda": "Kampuni z'ebyempuliziganya nnyingi mu Uganda." }, { "english": "The calling rates of some companies are too high compared to others.", "luganda": "Emiwendo gy'okukubaegya kampuni ezimu okukuba essimu giri waggulu bw'ogeraageranya n'endala." }, { "english": "Uganda hosted an international golf tournament at Entebbe golf grounds last year.", "luganda": "Uganda yakyaza empaka za goofu z'ensi yonna mu kifo ekizannyirwamu goofu Entebbe omwaka oguwedde." }, { "english": "Golf is one of the games with few fans in Uganda.", "luganda": "Goofu gumu ku mizannyo egirina abawagizi abatono mu Uganda." }, { "english": "How are the points calculated in this game?", "luganda": "Obubonero bubalibwa butya mu muzannyo guno?" }, { "english": "You must score the highest to win in sports.", "luganda": "Olina okuteeba ennyo okuwangula mu byemizannyo." }, { "english": "It takes the best player to win a game.", "luganda": "Kyetaagisa omuzannyi asinga okuwangula omuzannyo." }, { "english": "Golf tournaments are for the golf players.", "luganda": "Empaka za goofu za bazannyi ba goofu." }, { "english": "Golf is one of the rare sports played in Uganda.", "luganda": "Goofu gwe gumu ku mizannyo egitatera kuzannyibwa mu Uganda." }, { "english": "Golf leaders are putting in the effort to promote the golf game.", "luganda": "Abakulembeze ba goofu bateekamu amaanyi okutumbula omuzannyo gwa goofu." }, { "english": "Youths are being trained to play golf.", "luganda": "Abavubuka batendekebwa okuzannya goofu." }, { "english": "There are many sports games besides football.", "luganda": "Waliwo emizannyo mingi ng'oggyeko omupiira gw'ebigere." }, { "english": "There is always a team that has to win in the tournament.", "luganda": "Walina okubaawo ttiimu erina okuwangula empaka." }, { "english": "The tournament is to host over sixty golf clubs.", "luganda": "Empaka zirina okwetabwamu ttiimu za goofu ezisukka omukaaga." }, { "english": "Registration for the golf tournament participants is in progress.", "luganda": "Okwewandiisa kw'abaneetaba mu mpaka za goofu kugenda mu maaso." }, { "english": "Most projects are targeted to benefit the youth.", "luganda": "Pulojekiti ezimu zigendereramu kuganyula bavubuka" }, { "english": "Majority of the youths in Uganda are unemployed.", "luganda": "Abavubuka abasinga obungi mu Uganda tebalina mirimu." }, { "english": "Fish farming is the rearing of fish in ponds tanks and more.", "luganda": "Okulunda ebyennyanja kwe kulundira ebyennyanja mu bidiba ttanka n'ebirala." }, { "english": "Fish farming is carried out for commercial purposes.", "luganda": "Okulunda ebyennyanja kukolebwa kufunamu nsimbi." }, { "english": "Income-generating projects are a source of income.", "luganda": "Pulojekiti ezivaamu ensimbi nsibuko ya ssente." }, { "english": "I suppose every elder has ever been a youth at a certain stage in life.", "luganda": "Nkikakasa nti buli mukulembeze yaliko omuvubuka mu kiseera ekimu bulamu." }, { "english": "What is the age range for the youths?", "luganda": "Abavubuka bali mu kigero kya myaka emeka?" }, { "english": "One at the age of thirty-five is not considered a youth.", "luganda": "Ow'emyaka asatu mu etaano tatwalibwa kuba muvubuka." }, { "english": "Youths should avoid smoking taking alcohol and drugs.", "luganda": "Abavuka balina okwewala okufuuweeta ssigala okunywa omwenge n'okukozesa ebiragalalagala." }, { "english": "Fish farming is an economic activity.", "luganda": "Okulunda ebyennyanja mulimu oguvaamu ensimbi." }, { "english": "Crop growing is carried out on land.", "luganda": "Okulima ebirime kukolebwa ku ttaka." }, { "english": "Agriculture can be done on a small scale.", "luganda": "Okulima n'okulunda bisobola okukolebwa mu kifo ekitono." }, { "english": "The president delegates to trusted government officials.", "luganda": "Pulezidenti asigira abakungu ba gavumenti abeesigwa." }, { "english": "A pledge is a promise to do something.", "luganda": "Obweyamo kuba kusuubiza okukola ekintu." }, { "english": "Roads are worked upon almost every financial year.", "luganda": "Enguudo zikolebwako kumpi buli mwaka gw'ebyensimbi." }, { "english": "Street lights light up the streets at night.", "luganda": "Ebitaala by'oku nguudo bimulisa enguudo ekiro" }, { "english": "Some demands are not to be met.", "luganda": "Ebyetaago ebimu tebirina kutuukirizibwa." }, { "english": "Gifts are given to those we love.", "luganda": "Ebirabo biweebwa abo be twagala." }, { "english": "We buy medicine from the drug shops.", "luganda": "Eddagala tuligula mu maduuka agatunda eddagala." }, { "english": "What is the role of the National Drug Authority in Uganda?", "luganda": "Ekitongole ky'eddagala mu Uganda kukola mulimu ki?" }, { "english": "Qualified health officers should manage health roles.", "luganda": "Abasawo balina okuddukanya emirimu gy'ebyobulamu." }, { "english": "Drug shops should be supervised to check out for expired drugs and more.", "luganda": "Amaduuka g'eddagala galina okulondoolwa okukebera eddagala eriyiseeko n'ebirala." }, { "english": "Very many drug shop outlets have been opened up in different places.", "luganda": "Amaduuka agatunda eddagala gagguddewo amatabi mangi mu bitundu eby'enjawulo." }, { "english": "Those that sell government procured items should be arrested.", "luganda": "Abo abatunda ebintu ebiguliddwa gavumenti balina okukwatibwa." }, { "english": "Some people are killed as they try to smuggle goods into Uganda.", "luganda": "Abantu abamu battibwa nga bagezaako kukukusa bintu kubiyingiza mu Uganda." }, { "english": "The quality of health services is still poor in Uganda.", "luganda": "Omutindo gw'ebyobujjanjabi gukyali mubi mu Uganda." }, { "english": "Unqualified medical officers should not manage health-related issues.", "luganda": "Abasawo abatali batendeke tebalina kukola ku bintu byekuusa ku bya bujjanjabi." }, { "english": "One needs a licence from the government to operate a business in Uganda.", "luganda": "Omuntu yeetaaga layisinsi okuva mu gavumenti okukola bizinensi mu Uganda." }, { "english": "Trading centres are the centre of business operations.", "luganda": "Obubuga ntabiro y'okuddukanyizibwamu bizinensi." }, { "english": "There are existing laws that govern the management of public health.", "luganda": "Waliwo amateeka agafuga obujjanjabi bw'olukale." }, { "english": "Licensed drug shops operate legally.", "luganda": "Amaduuka agatunda eddagala nga galina layisinsi gakola mu mateeka." }, { "english": "How is medicine audited?", "luganda": "Eddagala libalirirwa litya?" }, { "english": "Journalists get us news.", "luganda": "Bannamawulire batuwa amawulire." }, { "english": "Media companies employ journalists.", "luganda": "Kampuni z'amawulire ziwa bannamawulire emirimu." }, { "english": "Authoritative orders are obeyed.", "luganda": "Ebiragiro by'ekinnakyemalira bigobererwa." }, { "english": "The president made a state address on the prevailing pandemic disease.", "luganda": "Pulezidenti yayogeddeko eri eggwanga ku kirwadde bbunansi ekiriwo." }, { "english": "What is the role of a reporter?", "luganda": "Omusasi akola mulimu ki?" }, { "english": "Always try to solve matters by the law.", "luganda": "Bulijjo gezaako okugonjoola ensonga mu mateeka." }, { "english": "Media is a communication outlet used to store and deliver information.", "luganda": "Amawulire mukutu gwa mpuliziganya ogukozesebwa okutereka n'okuwa obubaka." }, { "english": "Corruption is almost everywhere in the country.", "luganda": "Obuli bw'enguzi kyenkana buli wamu mu ggwanga." }, { "english": "What is factual reporting?", "luganda": "Okwogera amazima kye ki?" }, { "english": "We have an internal audit this week.", "luganda": "Tulinayo okubalirira okw'omunda wiiki eno." }, { "english": "Investigations bring to light things that were done in the dark.", "luganda": "Okunoonyereza kuggyayo ebintu ebyakolebwa nga tetumanyi." }, { "english": "Allegations held on someone could be true or false.", "luganda": "Okuteebereza okukolebwa ku muntu kwandiba okutuufu oba okukyamu." }, { "english": "Journalists are not supposed to be subjective while performing their roles.", "luganda": "Bannamawulire tebalina kukola mulimu gwabwe nga basinziira ku ndowooza yaabwe." }, { "english": "Corrupt officers should be thoroughly investigated.", "luganda": "Abakungu abalya enguzi balina okunoonyerezebwako bulungi." }, { "english": "Failure to refund money that is not yours can cause you problems.", "luganda": "Okulemererwa okuzzaayo ssente ezitali zizo kiyinza okkuviirako ebizibu." }, { "english": "Roads are budgeted for almost every financial year.", "luganda": "Enguudo zibalirirwa kyenkana buli mwaka gw'ebyensimbi." }, { "english": "Who is the auditor general of Uganda?", "luganda": "Ani ssaababalirizi wa Uganda?" }, { "english": "Government units are also responsible for fighting corruption.", "luganda": "Ebitongole bya gavumenti nabyo bivunaanyizibwa okulwanyisa obuli bw'enguzi." }, { "english": "It is wise to pay workers after they have performed their roles.", "luganda": "Kya magezi okusasula abakozi nga bamalirizza emirimu gyabwe." }, { "english": "Police also help in fighting corruption.", "luganda": "Poliisi nayo eyambako mu kukwanyisa enguzi." }, { "english": "What is the role of the parliament?", "luganda": "Paalamenti ekola mulimu ki ?" }, { "english": "Road contractors buy materials from their service providers.", "luganda": "Abakozi b'enguudo bagula ebikozesebwa okuva mu babibasuubuza." }, { "english": "Planning ahead of time is very important.", "luganda": "Okwetegeka nga obudde tebunnatuuka kirungi nnyo." }, { "english": "What was in last month's health report?", "luganda": "Alipoota y'ebyobulamu ey'omwezi oguwedde yalimu biki?" }, { "english": "Under what circumstances can someone be released on bond?", "luganda": "Mu mbeera ki omuntu mw'asobola okuteebwa ku kakalu ka poliisi?" }, { "english": "The auditor general audits all government spending every financial year.", "luganda": "Ssaababalirizi wa gavumenti abalirira ensaasaanya ya gavumenti buli mwaka gw'ebyensimbi." }, { "english": "Nurse training schools equip nurses with the necessary skills to operate in the medical field.", "luganda": "Amasomero agatendeka abasawo gabawa obukugu obwetaagisa okukola mu kisaawe ky'obusawo." }, { "english": "Facts are proved to be true.", "luganda": "Amazima gakakasibwa okuba amatuufu." }, { "english": "At the end of the project we had to account for all the money.", "luganda": "Ku nkomerero ya pulojekiti twalina okubalirira ensimbi zonna." }, { "english": "Evidence provides proof that something actually happened.", "luganda": "Obujulizi buggyayo amazima nti ekintu kyaliwo." }, { "english": "The auditor general's report is made every financial year.", "luganda": "Alipoota ya ssaababalirizi wa gavumenti ekolebwa buli mwaka gw'ebyensimbi." }, { "english": "What is the role of the accountant general?", "luganda": "Omubalirizi akola mulimu ki?" }, { "english": "Producing fake evidence before the court is punishable by law.", "luganda": "Okuwa obujulizi obw'obulimba mu kkooti kubonerezebwa mu mateeka." }, { "english": "Inadequate money could delay operations.", "luganda": "Ssente entono ziyinza okizingamya emirimu." }, { "english": "Financial officers account for and manage funds.", "luganda": "Abakugu mu byenfuna babalirira n'okukwata obulungi ensimbi." }, { "english": "Unaccounted money should be refunded.", "luganda": "Ensimbi ezitabaliriddwa zirina okukomezebwawo." }, { "english": "The auditor general's report has very many queries.", "luganda": "Alipoota ssaababalirizi eriko ebibuuzo bingi." }, { "english": "Is it right for schools to be traded for other activities?", "luganda": "Kituufu amasomero okukozesebwa okutunda ebintu ebirala?" }, { "english": "Stadiums host thousands of people.", "luganda": "Ebisaawe bituuza nkumi n'enkumi z'abantu." }, { "english": "The construction work is going to be very expensive.", "luganda": "Omulimu gw'okuzimba gugenda kuba gwa bbeeyi nnyo." }, { "english": "Members of parliament represent community members at a national level.", "luganda": "Ababaka ba paalamenti bakiikirira abantu mu bitundu ku mutendera gw'eggwanga." }, { "english": "As a member of parliament what is your role?", "luganda": "Ng'omubaka wa paalamenti okola mulimu ki?" }, { "english": "Investors invest in a certain project for a purpose.", "luganda": "Bamusigansimbi basiga ssente mu pulojekiti ezimu n'ekigendererwa." }, { "english": "East or west homes are the best.", "luganda": "Ggye buva ne gye bulaga ewaka ye wasinga." }, { "english": "Companies through social corporate responsibility give back to the community.", "luganda": "Amakampuni nga gayita mu nkola ya muzzanganda gaddiza abantu." }, { "english": "Schools need to have playgrounds for students to play.", "luganda": "Amasomero geetaaga okuba n'ebisaawe abayizi mwe basobola okuzannyira." }, { "english": "Experts are people that are specialised in what they do.", "luganda": "Abakugu be bantu abalina obumanyirivu mu kye bakola." }, { "english": "Through unity we can achieve a lot.", "luganda": "Bwe twegatta tusobola okutuuka ku bingi." }, { "english": "It is wrong to assume that all Muslims are violent.", "luganda": "Kikyamu okulowooza nti abayisiraamu bonna bakozi ba ffujjo." }, { "english": "A subsidiary is a branch of the main company.", "luganda": "Ettabi ettono liba kitundu ku ttabi ekkulu." }, { "english": "The land has been gazetted for forests.", "luganda": "Ettaka likakasiddwa nga lya kibira." }, { "english": "Resources like minerals if exploited can lead to economic development.", "luganda": "Ebintu nga eby'obugagga by'omuttaka bisobola okuleetawo enkulaakulana mu by'enfuna singa bikozesebwa bulungi." }, { "english": "Uganda's financial year runs from the first day of July to the thirtieth of June.", "luganda": "Omwaka gw'ebyensimbi mu Uganda guva nga limu ogwomusanvu okutuusa nga kkumi na ssatu ogwomukaaga." }, { "english": "Billions of money are spent by the government every year.", "luganda": "Obuse bwa ssente busaasaanyizibwa gavumenti buli mwaka." }, { "english": "The hosting communities for refugees in Uganda are very friendly.", "luganda": "Ebitundu ebisenza abanoonyiboobubudamu bya mukwano nnyo." }, { "english": "Plans are in place to build new district offices.", "luganda": "Enteekateeka z'okuzimba woofiises za disitulikiti empya zikyagenda mu maaso." }, { "english": "Madi is one of the newly created cities.", "luganda": "Madi kye kimu ku bibuga ebipya ebyakatondebwawo." }, { "english": "Silence is one of the most challenging tasks a leader has to take on.", "luganda": "Okusirika kye kimu ku bigezeso ebisinga okusoomooza omukulembeze by'alina okukola." }, { "english": "Civil servants are the most corrupt public officials.", "luganda": "Abakozi ba gavumenti be basinga okulya enguzi ." }, { "english": "Ntoroko is the least corrupt district in Uganda.", "luganda": "Ntoroko ye disitulikiti esingamu obuli bw'enguzi." }, { "english": "There should be full accountability for government funds.", "luganda": "Walina okubaawo okubalirira ensimbi za gavumenti mu bujjuvu." }, { "english": "The mayor refused to attend the district meeting.", "luganda": "Meeya yagaana okwetaba mu lukiiko lwa disitulikiti." }, { "english": "Infrastructures in the school contribute to the learning environment.", "luganda": "Ebizimbe by'omu ssomero bikola kinene ku mbeera esomerwamu." }, { "english": "The pupils haven't had access to such facilities since the school was opened.", "luganda": "Abayizi tebannafuna bintu ng'ebyo okuva essomero lwe lyaggulwawo." }, { "english": "Parents have pledged to construct one classroom block.", "luganda": "Abazadde beeyamye okuzimba ekizimbe ky'okusomeramu kimu." }, { "english": "When it rains the pupils get shelter from the nearby church.", "luganda": "Enkuba bw'etonnya abayizi baggama ku kkanisa eriraanyeewo." }, { "english": "The leaking of classrooms makes children have negativity about their school.", "luganda": "Okutonnya kw'ebibiina kuleetera abaana okwetamwa essomero." }, { "english": "The government needs to plan for public schools in rural areas urgently.", "luganda": "Gavument yeetaaga mu bwangu okuteekerateekera amasomero gaayo mu byalo." }, { "english": "The teacher said that the pupils got used to having class without food.", "luganda": "Omusomesa yagamba nti abayizi baamanyiira okusoma nga tebalidde." }, { "english": "Pupils got wet after the classroom room was blown away by the storm.", "luganda": "Abayizi baatoba oluvannyuma lwa kibuyaga okubambulako ekibiina akasolya." }, { "english": "Our school was among the list of schools the government-funded to this year.", "luganda": "Essomero lyaffe lyali ku lukalala gavumenti ge yavujjirira omwaka guno." }, { "english": "Good quality infrastructure improves learners' academic performance.", "luganda": "Ebizimbe ebiri ku mutindo omulungi bitumbula ensoma y'abaana." }, { "english": "It is one of the best performing schools in the district.", "luganda": "Lye limu ku masomero agasinga okukola obulungi mu disitulikiti." }, { "english": "Many schools in rural areas operate under trees.", "luganda": "Amasomero mangi mu byalo agasomeseza wansi w'emiti." }, { "english": "He was surprised that the iron sheets were not delivered to the school.", "luganda": "Yeewuunya nti amabaati tegaatuuka ku ssomero." }, { "english": "The member of parliament is constructing latrines for my former school.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti azimbira ssomero lyange lye nnasomerako kaabuyonjo." }, { "english": "Being a public school the government is supposed to provide all the scholastic materials.", "luganda": "Olw'okuba essomero lya gavumenti erina okuwa ebikozesebwa byonna ku ssomero." }, { "english": "South Sudan has a plan of importing power from neighbouring countries.", "luganda": "South Sudan erina enteekateeka y'okuggya amasannyalaze mu nsi eziriraanyeewo." }, { "english": "They are finding ways that will help them guide the community's decision-making process.", "luganda": "Bali mu kutema mpenda ezinaabayamba okulambika bantu mu kukola okusalawo." }, { "english": "There should be unity among East Africa countries.", "luganda": "Walina okubaawo obumu wakati w'amawanga ga East Africa." }, { "english": "They are still planning for the project.", "luganda": "Pulojekiti bakyagiteekerateekera." }, { "english": "Uganda has exported power to some neighbouring countries.", "luganda": "Uganda etunda amasannyalaze mu nsi ezimu ezigiriraanye." }, { "english": "Power has been provided for the West Nile region.", "luganda": "Amasannyalaze gatuusiddwa mu bitundu by'e West Nile." }, { "english": "The company will help to generate power for the region.", "luganda": "Kampuni ejja kuyamba kukola amasannyalaze mu kitundu." }, { "english": "The power generation plant will be switched on at night.", "luganda": "Ebbibiro ly'amasannyalaze lwa kuteekebwako ekiro." }, { "english": "The main power installation will be carried out in July.", "luganda": "Okuyingiza amasannyalaze okusinga kujja kukolebwa mu gwomusanvu." }, { "english": "Arua is now connected to power.", "luganda": "Arua kati eyungiddwa ku masannyalaze." }, { "english": "Border towns near Congo have also requested for power connection.", "luganda": "Ebibuga ebiri ku nsalo okulirana Congo nabyo bisabye okuyungibwa ku masannyalaze." }, { "english": "Plans are in place to extend power to the border region.", "luganda": "Enteekateeka zigenda mu maaso okutuusa amasannyalaze mu kitundu ky'oku nsalo." }, { "english": "The village leader is very grateful to the government.", "luganda": "Omukulembeze w'ekyalo musanyufu nnyo eri gavumenti." }, { "english": "It is difficult for Investors to come to a region if there is no power.", "luganda": "Kizibu musigansimbi okujja mu kitundu nga tekirina masannyalaze." }, { "english": "In addition to the roads that have been completed power is also critical.", "luganda": "Okwongerza ku nguudo ezimaze okukoleddwa amasannyalaze nago kintu kikulu." }, { "english": "Reliable electricity must be delivered to the people in Northern Uganda.", "luganda": "Amasannyalaze agatavaako galina okuweebwa abantu b'omu bukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "The village leader has been deployed to ensure the success of the project.", "luganda": "Omukulembeze w'ekyalo yateekeddwawo okulaba nti pulojekiti eggwa bulungi." }, { "english": "Electricity poles should be planted during the dry season.", "luganda": "Ebikondo by'amasannyalaze birina okusimbibwa mu biseera by'omusana." }, { "english": "Are schools feeding the pupils well?", "luganda": "Amasomero galiisa bulungi abayizi?" }, { "english": "During that year sugar prices rose.", "luganda": "Mu mwaka ogwo emiwendo gya ssukaali gyeyongera." }, { "english": "A healthy breakfast helps students to do better in school.", "luganda": "Ekyenkya ekirungi kiyamba abayizi okusoma obulungi ku ssomero." }, { "english": "Poverty affects children's performance in class.", "luganda": "Obwavu bukosa ensoma y'abaana mu kibiina." }, { "english": "The students have been silent about the breakfast issue.", "luganda": "Abayizi babadde kasirise ku nsonga y'ekyenkya." }, { "english": "Breakfast is inclusive of the tuition fee.", "luganda": "Ekyenkya kwe kiri ku nsimbi z'ebyetaago." }, { "english": "Access to nutritious food is limited.", "luganda": "Okufuna emmere erimu ebiriisa kizibu." }, { "english": "A child can get sick and fail to go to school.", "luganda": "Omwana asobola okulwala n'alemererwa okugenda ku ssomero." }, { "english": "Such issues affect a student's performance.", "luganda": "Ebintu ng'ebyo bikosa ensoma y'omuyizi." }, { "english": "Prices don't easily go down after rising.", "luganda": "Emiwendo si kyangu okukka nga girinnye." }, { "english": "The school administration tried to explain to the students the challenge in the economy.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya essomero kaagezaako okunnyonnyola abayizi okuzoomoozebwa mu byenfuna." }, { "english": "The school management held a meeting to discuss the situation.", "luganda": "Bannannyini ssomero baatuuzizza olukiiko okukubaganya ebirowoozo ku mbeera." }, { "english": "The school provides lunch and supper to the students.", "luganda": "Essomero liwa abayizi ekyemisana n'ekyeggulo." }, { "english": "The headmaster was not aware of students selling their personal property.", "luganda": "Omukulu w'essomero yali tamanyi ku kya bayizi kwetundako bintu byabwe." }, { "english": "Children should be provided free breakfast at school.", "luganda": "Abaana balina okuweebwa ekyenkya eky'obwereere ku ssomero." }, { "english": "Most of the students in that school are on government sponsorship.", "luganda": "Abayizi abasinga ku ssomero eryo bali ku sikaala za gavumenti." }, { "english": "Journalists have condemned the suspension of their colleagues.", "luganda": "Bannamawulire bavumiridde eky'okuyimiriza kwa bannaabwe." }, { "english": "The day was honoured by the planting of trees the whole time.", "luganda": "Olunaku lwabaddeko okusimba emiti obudde bwonna." }, { "english": "The media captured the arrest of one of the aspirants of the presidential seat.", "luganda": "Amawulire gaakutte okukwatibwa kw'omu ku bavuganya ku ntebe y'obwa pulezidenti." }, { "english": "The minister ordered the arrest of the journalist who captured the story.", "luganda": "Minisita yalagira okukwatibwa kwa munnamawulire eyakola eggulire." }, { "english": "Other journalists raised complaints about the minister's decision.", "luganda": "Bannamawulire abalala beemulugunya ku kusalawo kwa minisita." }, { "english": "Is the communication body turning into a political institution?", "luganda": "Ekitongole ky'ebyempuliziganya kifuuse kya byabufuzi?" }, { "english": "It doesn't make sense if media houses are stopped from covering news concerning politics.", "luganda": "Tekikola makulu ng'ebitongole by'amawulire biyimirizibwa okukwata amasulire ageekuusa ku byobufuzi." }, { "english": "His role is to regulate what is communicated to the public.", "luganda": "Omulimu gwe gwa okulambika biki ebirina okutuusibwa ku bantu ." }, { "english": "People have the right to access information.", "luganda": "Abantu balina eddembe okufuna amawulire." }, { "english": "Television stations had ignored the government warning not to cover the opposition leader's conference.", "luganda": "Emikutu gya telefayina gyali giziimudde okulabulwa kwa gavumenti obutaweereza nkungaana za bakulembeze ba ludda luvuganya gavumenti." }, { "english": "No law stops journalists from capturing political stories.", "luganda": "Tewali tteeka ligaana bannamawulire kukwata mawulire ga byabufuzi." }, { "english": "People are complaining about the decision made by the commission director.", "luganda": "Abantu beemulugunya ku kusalawo okwakoleddwa akulira akakiiko k'ebyempuliziganya." }, { "english": "Uganda has launched an independent media council.", "luganda": "Uganda etongozza akakiiko k'ebyamawulire akeetengeredde." }, { "english": "The leader praised the media for creating public awareness.", "luganda": "Omukulembeze yasiima amawulire olw'okumanyisa abantu." }, { "english": "The media has played a crucial role in protecting children's rights through awareness.", "luganda": "Amawulire gakoze omulimu gwa ttendo okukuuma eddembe ly'abaana ng'eyita mu kumanyisa abantu." }, { "english": "Without communication the world would be in danger separated and confused.", "luganda": "Ewatali kuwuliziganya ensi yandibadde mu buzibu yeeyawudde n'okutabulwa." }, { "english": "He encouraged them to plant more trees this year.", "luganda": "Yabakubirizza okusimba emiti emirala omwaka guno." }, { "english": "The team is playing a friendly match with the team from the neighbouring camp.", "luganda": "Tiimu ezannya omuzannyo gw'omukwano ne tiimi okuva mu nkambi y'okumulirwano ." }, { "english": "The netball match is between the youth and children from the settlements.", "luganda": "Omuzannyo gw'okubaka guli wakati w'abavubuka n'abaana okuva mu nkambi." }, { "english": "The project is carrying out developments in remote areas around the world.", "luganda": "Pulojekiti ekola ku nkulaalulana mu byalo okwetooloola ensi." }, { "english": "The project is not about achieving money but rather boost the player's talents.", "luganda": "Pulojekiti teri ku kufuna nsimbi wabula egendereddwa kutumbula bitone by'abazannyi." }, { "english": "The company has previously been in partnership with other different companies.", "luganda": "Kkampuni emabegako ebadde mu mukago ne kampuni ez'enjawulo." }, { "english": "Through football they will build a good relationship between youth from different regions.", "luganda": "Okuyita mu mupiira bajja kuzimba enkolagana ennungi wakati w'abavuka okuva mu bitundu eby'enjawulo" }, { "english": "Football is an easy way of bringing communities together.", "luganda": "Omupiira gw'ebigere y'engeri ennyangu ey'okugattamu ebitundu awamu." }, { "english": "They are using sport to empower young refugees.", "luganda": "Bakozesa omuzannyo okusitula abanoonyiboobubudamu abato." }, { "english": "Sport for development and peace can transform the lives of the youth.", "luganda": "Omuzannyo ku lw'enkulaakulana n'emirembe kisobola okukyusa obulamu bw'omuvubuka." }, { "english": "Sports has helped the youth to forget the suffering they faced during the war.", "luganda": "Ebyemizannyo biyambye abavubuka okwelabira okubonaabona kwe baayitamu mu lutalo." }, { "english": "His income has transformed their way of living.", "luganda": "Ensimbi ze zikyusizza obulamu bwabwe." }, { "english": "He got a scholarship for being the best football player in the region.", "luganda": "Yafuna sikaala olw'okuba omuzannyi w'omupiira asinga mu kitundu." }, { "english": "The organization is promoting digital learning in Uganda.", "luganda": "Ekitongole kitumbula okusomera ku mutimbagano mu Uganda." }, { "english": "Government is to buy tablets for children in public schools in our home village.", "luganda": "Gavumenti yaakugulira baana embaati z'amasimu mu masomero ga gavumenti ku kyalo kyaffe." }, { "english": "My former school was the first school to receive the tablets.", "luganda": "Essomero lyange lye nnasomerako lye lyasooka okuweebwa essimu z'embaati." }, { "english": "Some people don't get fully paid after selling their land.", "luganda": "Abantu abamu tebabasasula kubamalayo nga batunze ettaka lyabwe." }, { "english": "Learning is facilitated by technology that gives children some element of control over time.", "luganda": "Okusoma kugenda na tekinologiya awa abaana okufuga mu biseera ebimu." }, { "english": "It is aimed at improving the educational system in Uganda.", "luganda": "Kigendereddwamu kutumbula ebyensoma mu Uganda." }, { "english": "The organization will donate more tablets to more schools.", "luganda": "Ekitongole kijja kuwa amasomero essimu z'embaati endala." }, { "english": "The organization has injected huge sums of money in the purchase of tablets.", "luganda": "Ekitongole kitadde ssente nkumu mu kugula essimu z'embaati." }, { "english": "Digital learning will help students to study away from school.", "luganda": "Okusoma kw'oku mutimbagano kujja kuyamba abayizi okusomera awaka." }, { "english": "Learning encourages open and sincere communication.", "luganda": "Okusoma kuyamba omuntu okwogera kyere n'obulambulukufu." }, { "english": "They intend to cover a bigger percentage of schools in the country.", "luganda": "Baagenderera okutuuka mu masomero agasinga mu gwanga." }, { "english": "Learning enables children to grow fast.", "luganda": "Okusoma kuyamba abaana okukula amangu." }, { "english": "It will also save time and money.", "luganda": "Era kijja kutaasa obudde n'ensimbi." }, { "english": "Teachers are to also benefit from the learning.", "luganda": "Abasomesa nabo baakuganyulwa mu kusoma." }, { "english": "It eases access to information for the teachers.", "luganda": "Kyanguyiza abasomesa okufuna obubaka." }, { "english": "Children can identify information from other resources.", "luganda": "Abaana basobola okufuna obubaka okuva mu bintu ebirala." }, { "english": "Students who use digital gadgets perform worse in exams.", "luganda": "Abayizi abakozesa ebintu by'omutimbagano bakola bubi nnyo mu bigezo." }, { "english": "Some truck drivers get arrested due to lack of driving licenses.", "luganda": "Baddereeva ba loore abamu bakwatibwa olw'obutaba nga bisaanyizo bya kuvuga." }, { "english": "Border security should be tightened to fight smuggling.", "luganda": "Obyokwerinda ku nsalo birina okunywezebwa okusobola okulwanyisa okukukusa ebintu." }, { "english": "Community policing can be used as a way of fighting smuggling.", "luganda": "Okulawuna ebitundu kusobola okukozesebwa ng'engeri y'okulwanyisa okukukusa ebintu." }, { "english": "The war in South Sudan has led to the death of Ugandans.", "luganda": "Olutalo oluli mu South Sudan luviiriddeko okufa kwa bannayuganda." }, { "english": "Porous borders are one of the channels used for smuggling.", "luganda": "Ensalo ezitaliiko bukuumi ze zimu ku mikutu egikozesebwa okukukusa ebintu." }, { "english": "A border patrol department is essential in fighting illegal trade.", "luganda": "Ekitongole ekikuuma ensalo kya nkizo nnyo mu kulwanyisa obusuubuzi obutali bwa mu mateeka." }, { "english": "Looting of any kind is forbidden during demonstrations.", "luganda": "Okunyaga ebintu ebya buli ngeri tekikkirizibwa mu kwekalakaasa." }, { "english": "Scrap dealers should be regulated to fight theft.", "luganda": "Abatunda ebyuma ebikadde balina okuteekebwako ekkomo okusobola okulwanyisa obubbi." }, { "english": "Lack of regulation of scrap dealers can result in problems.", "luganda": "Okubulwa kw'ebiragiro ku batunda ebyuma ebikadde kiyinza okuvaamu ebizibu." }, { "english": "All trucks need to be cleared to combat trading in counterfeits.", "luganda": "Loore zonna zeetaaga okukeberwa okusobola okuggyawo okusuubula ebicupuli." }, { "english": "Proper sensitization of truck drivers is essential in fighting smuggling.", "luganda": "Okusomesa abavuzi ba lukululana okutuufu kulungi mu kulwanyisa okukukusa ebintu." }, { "english": "Some security officials connive with illegal traders to smuggle goods.", "luganda": "Ab'ebyokwerinda abamu bakolagana n'abasuubuzi okukukusa eby'amaguzi." }, { "english": "Porous borders are used for illegal car trade with neighbouring countries.", "luganda": "Ensalo ezitaliiko bukuumi zikozesebwa mu busuubuzi bw'emmotoka obutali mu mateeka n'amawanga agaliraanyeewo." }, { "english": "Children should monitor their children's habits for proper upbringing.", "luganda": "Abaana balina okufaayo ku mpisa zaabwe okusobola okukula obulungi." }, { "english": "Lack of proper upbringing results in prostitution among girls.", "luganda": "Obutakuzibwa bulungi kiviirako obwa malaaya mu baana ab'obuwala." }, { "english": "Church leaders should pass on the message of togetherness to prevent violence.", "luganda": "Abakulembeze b'ekkanisa balina okubuulirira obubaka bw'obumu okwewala obutabanguko." }, { "english": "Unity brings about economic development due to stability.", "luganda": "Obumu buleeta enkukulaakuna mu byenfuna olw'obutebenkevu." }, { "english": "Parental care is essential for child growth.", "luganda": "Okulabirirwa kw'abazadde kikulu mu kukula kw'omwana." }, { "english": "A good education system produces capable professionals of tomorrow.", "luganda": "Ensomesa ennungi efulumya abakugu b'enkya abalina obusobozi." }, { "english": "Youths should focus on creating jobs rather than job searching.", "luganda": "Abavubuka essira balina kuliteeka ku kutondawo mirimu sso si kuginoonya." }, { "english": "Water shortage often results in poor sanitation.", "luganda": "Ebbula ly'amazzi litera okuvaamu obukyafu." }, { "english": "Boreholes are an important source of water in rural areas.", "luganda": "Nnayikondo nsibuko z'amazzi ez'omugaso mu bitundu by'ebyalo." }, { "english": "The government should promote local tourism for economic development.", "luganda": "Gavumenti erina okutumbula ebyobulambuzi ebya kuno okusobola okusitula ebyenfuna." }, { "english": "Recent kidnappings have raised worry in communities.", "luganda": "Ebiwambabantu ebibadde bibadde bireeseewo obweraliikirivu mu bantu." }, { "english": "Unemployment is seen as one of the causes of kidnappings.", "luganda": "Ebbulwa ly'emirimu lirabibwa ng'ekimu ku kireeta ebiwambabantu." }, { "english": "Use a taxi with enough people in it to avoid being kidnapped.", "luganda": "Kozesa ttakisi erimu abantu abawera okwewala okuwambibwa." }, { "english": "Kidnappers often ask for ransom or sometimes kill the victim.", "luganda": "Abawamba abantu batera okusaba ensimbi oba ebiseera ebimu ne batta omuntu." }, { "english": "Always draw up your car's mirrors and lock doors for your security.", "luganda": "Bulijjo yambusa endabirwamu z'emmotoka yo oggale n'enzigi olw'ebyokwerinda byo." }, { "english": "Street surveillance can be used to fight to kidnap", "luganda": "Okuteeka kkamera ku nguudo kiyinza okweyambisibwa okulwanyisa ekiwambabantu." }, { "english": "Victims of kidnap often suffer post-traumatic stress.", "luganda": "Ababeera bawambiddwa batera okukosebwa mu birowoozo nga bateereddwa." }, { "english": "Report to police any suspicious people in the community", "luganda": "Loopa ku poliisi abantu bonna abeekengerwa mu kitundu." }, { "english": "Police investigations usually take a long time before being reported.", "luganda": "Okunoonyereza kwa poliisi kutera okutwala ekisera ekiwanvu okufulumya alipoota." }, { "english": "Clean renewable energy is good for environmental conservation.", "luganda": "Amasannyalaze g'amaanyi g'obutonde amayonjo malungi mu kukuuma obutonde." }, { "english": "Strict regulations should be imposed on charcoal makers.", "luganda": "Obukwakkulizo obukakali bulina okuteebwa ku bookya amanda." }, { "english": "The average citizen does not understand global warming.", "luganda": "Omuntu wa wansi tategeera okulinnya kw'ebbugumu mu kitundu okuviirako enkyukakyuka mu mbeera y'obudde kye ki?" }, { "english": "People need to be sensitized on issues of climate change.", "luganda": "Abantu beetaaga okumanyisibwa ku nsonga y'enkyukakyuka y'embeera y'obudde." }, { "english": "If you see a counterfeit product report it to the authorities.", "luganda": "Bw'olaba ekintu ekicupule loopa eri aboobuyinza." }, { "english": "Tree planting is one of the ways we can conserve our environment.", "luganda": "Okusimba emiti y'emu ku ngeri gye tuyinza okukuumamu obutonde bwaffe." }, { "english": "Each home should plant one tree to fight climate change.", "luganda": "Buli maka galina okusimba omuti okusobola okulwanyisa enkuyukakyuka y'embeera y'obudde." }, { "english": "Good breeds of trees should be distributed to homes for planting.", "luganda": "Endokwa z'emiti ennungi zirina okugabirwa amaka okusimbibwa." }, { "english": "Forestry officials have been accused of being corrupt.", "luganda": "Abakungu b'ebibira bavunaaniddwa kulya nguzi." }, { "english": "There are reports of mismanagement of funds in tree distribution.", "luganda": "Waliwo alipoota ku nkozesa y'obuyambi embi kugaba emiti." }, { "english": "Lack of proper forest monitoring has supported deforestation.", "luganda": "Okulemererwa okulondoola ebibira obulungi kiviiriddeko okubisaanyaawo." }, { "english": "Young trees should properly be monitored for proper growth.", "luganda": "Emiti emito girina okulondoola ennyo okukula obulungi." }, { "english": "Tree planting can be spread to schools through school clubs.", "luganda": "Okusimba emiti kisobola okubunyisibwa mu masomero okuyita mu bibiina b'essomero." }, { "english": "The government needs to work with community leaders to fight deforestation.", "luganda": "Gavumenti yeetaaga okukola n'abakulembeze b'ebitundu okulwanyisa okusaanyaawo ebibira." }, { "english": "Refugee settlements should be monitored to avoid child trafficking.", "luganda": "Ebifo ebirimu abanoonyiboobubudamu birina okulondoolwa okwewala ekibbabaana." }, { "english": "The honey industry is growing and will create jobs for the youth.", "luganda": "Ekkolero ly'omubisi gw'enjuki likula era lijja kutonderawo abavubuka emirimu." }, { "english": "More funding should be given to beekeepers to grow their businesses.", "luganda": "Obuvujjirizi obulala bulina okweweebwa abalunzi b'enjuki okukulaakulanya bizinensi zaabwe." }, { "english": "Better packaging can improve honey sales significantly.", "luganda": "Ensabika ennungi esobola okwongera ku bungi bw'omubisi ogutundibwa." }, { "english": "Middlemen in the honey business earn more than the farmers.", "luganda": "Bakayungirizi mu bizinensi y'omubisi gw'enjuki bafuna nnyo okusinga abalimi." }, { "english": "Beekeepers need to be equipped with more skills to grow business.", "luganda": "Abalunzi b'enjuki beetaaga okuweebwa n'obukodyo obulala okukulaakulanya bizinensi." }, { "english": "Bookkeeping is an essential skill in tracking business performance.", "luganda": "Okubala ebitabo kakodyo ka nkizo mu kulondoola entambula ya bizinensi." }, { "english": "Better processing methods can improve the quality of honey produced.", "luganda": "Enkola z'okufulumyamu omubisi ennungi zisobola okwongera ku mutindo gw'omubisi ogufulumizibwa." }, { "english": "Honey storage also has an impact on the quality of honey produced.", "luganda": "Entereka y'omubisi nayo erina ky'eyongera ku mutindo gw'omubisi ogufulumizibwa." }, { "english": "Beekeeping is not hard but profitable.", "luganda": "Okulunda enjuki si kizibu naye kiriko amagoba." }, { "english": "Better quality of the honey will enable farmers to export their produce.", "luganda": "Omutindo gw'omubisi gw'enjuko omulungi gujja kuyamba abalunzi okutunda bye bafulumizza ebweru w'eggwanga." }, { "english": "Beekeepers should be taught on how to market their honey.", "luganda": "Abalunzi b'enjuki balina okusomesebwa ku ngeri y'okutundamu omubisi gwabwe." }, { "english": "Commercial agriculture is one way of alleviating people from poverty.", "luganda": "Obulimi n'obulunzi eby'ensimbi y'emu ku ngeri y'okuggya abantu mu bwavu." }, { "english": "Tree planting is good for honey production because it provides a suitable environment.", "luganda": "Okusimba emiti kirungi mu nfulumya y'omubisi kubanga kissaawo embeera ennungi." }, { "english": "Beekeepers should form a saving society to raise capital for members.", "luganda": "Abalunzi b'enjuki balina okutandikawo ekibiina ekitereka ensimbi okukungaanyiza bammemba ssente z'entandikwa." }, { "english": "Donations are essential for the smooth running of orphanages.", "luganda": "Obugabi bwetaagisa okusobola okuddukanya obulungi ebifo awakuumibwa bamulekwa." }, { "english": "Stolen schooL textbooks are sold for cheap in the black markets.", "luganda": "Obutabo bw'amasomero obubbibwa butundibwa ku bbeeyi eya wansi etaliiko mateeka gagobererwa." }, { "english": "Parents should give birth when ready to reduce orphanage numbers.", "luganda": "Abazadde balina okuzaala nga beetegefu okukendeeza ku muwendo gwa bamulekwa." }, { "english": "Smart cities are the future of housing and environmental protection.", "luganda": "Ebibuga ebirimu tekinologiya by'ebiseera by'omu maaso eby'okuzimba n'okukuuma obutonde." }, { "english": "Donation of scholastic materials good for student performance.", "luganda": "Okugaba ebikozesebwa mu masomero kirungi mu nsoma y'omuyizi." }, { "english": "A good education leads to a bright future for students.", "luganda": "Ensomesa ennungi eviirako ebiseera by'omuyizi eby'omu maaso ebitangaavu." }, { "english": "Rotary club has often come out to donate to orphanages.", "luganda": "Ekibiina bya lotale bitera kizze kivaayo okuyamba ebifo ewakuumirwa bamulekwa." }, { "english": "Children under their parents should be grateful.", "luganda": "Abaana abali me bazadde baabwe balina okwesiima ennyo." }, { "english": "Orphanages offer educational services to interested orphans.", "luganda": "Amaka awakuumirwa bamulekwa gasomesa bamulekwa abaagala." }, { "english": "Individual contributions from members keep the club running.", "luganda": "Okuwaayo kwa bammemba kikuuma ekibiina nga kigenda mu maaso." }, { "english": "More youths should take part in community outreaches.", "luganda": "Abavubuka abalala balina okwenyigira mu bintu ebiyamba ekitundu." }, { "english": "Every donation made helps to take care of an orphan.", "luganda": "Buli kiweebwayo kiyamba okulabirira mulekwa." }, { "english": "Even the smallest donation puts a smile on someone's face.", "luganda": "N'ekiweebwayo ekitono kissa akamwenyumwenyu mu bwenyi bw'omuntu." }, { "english": "Private organizations should come out and support orphanages.", "luganda": "Ebitongole by'obwannannyini birina okuvaayo okuyamba ku bifo ewakuumirwa bamulekwa." }, { "english": "Most churches start orphanages to support orphans in their communities.", "luganda": "Ekkanisa ezisinga zitandikawo ebifo awakuumirwa bamulekwa okuyamba ku bamulekwa mu bitundu." }, { "english": "Reproductive Health should be taught to adolescents in schools.", "luganda": "Ebyobulamu byokuzaala birina okusomesebwa abaana abavubuka mu masomero." }, { "english": "Lack of reproductive health education results in unwanted pregnancies", "luganda": "Obutasomesebwa ku byobulamu by'okuzaala kivaamu embuto ezitaagalibwa." }, { "english": "Sex education is an important topic often ignored by parents.", "luganda": "Essomo ku by'okwegatta mulamwa ogw'omugaso abazadde gwe basuulirira." }, { "english": "Family planning should be taught at University as an essential course.", "luganda": "Enteekateeka y'ezzadde kirina okusomesebwa ku ssettendekero nga kkoosi ery'enkizo." }, { "english": "Combining both sexes for sex education is important and eliminates tension.", "luganda": "Okugatta ebikula byombi mu kusoma ebikwata ku kwegatta kya mugaso era kimalawo obunkenke." }, { "english": "Men need knowledge about menstruation to stop stigmatising girls.", "luganda": "Abasajja beetaaga okumanya ku nsonga z'abakyala balekere awo okutya abawala." }, { "english": "Men should be supportive of their partner when in their menstruation period.", "luganda": "Abasajja balina okuyamba ku baagalwa baabwe nga bali mu nsonga z'ekikyala." }, { "english": "All teenage girls need affordable access to sanitary pads.", "luganda": "Abawala abavuvuka bonna beetaaga okuba n'obusobozi okufuna ppamba w'ekikyala." }, { "english": "There are many sexual myths that often misguide teenagers.", "luganda": "Waliwo ebiwanuuzibwa bingi ku kwegatta ebitera okulambika abavubuka." }, { "english": "Teenagers need sex education before it's too late.", "luganda": "Abavubuka beetaaga okusomesebwa ku by'okwegatta nga bukyali." }, { "english": "Early teenage pregnancies are a major problem in rural areas.", "luganda": "Embuto mu bavubuka abato kizibu kinene nnyo mu byalo." }, { "english": "Academic exchange programs help strengthen ties between institutions.", "luganda": "Okuwaanyisiganya ebisomesebwa kiyamba okunywerera enkolagana mu matendekero." }, { "english": "Saving club rules should be followed to prevent fraud.", "luganda": "Amateeka g'ebibiina ebitereka ssente galina okugobererwa okwewala obufere." }, { "english": "Every Ugandan child has the right to a good education.", "luganda": "Buli mwana omunnayuganda alina eddembe okusoma obulungi." }, { "english": "Leaders must lead by example to be taken seriously.", "luganda": "Abakulembeze balina okuba eky'okulabirako basobole okuwulirwa." }, { "english": "Student associations create unity among members.", "luganda": "Ekibiina ebigatta abayizi bitondawo obumu mu bammemba." }, { "english": "Student associations can be used as savings clubs for members.", "luganda": "Ebibiina ebigatta abayizi basobola okukozesebwa ng'ebibiina by'okutereka ensimbi za bammemba." }, { "english": "Members of a student association can take part in agriculture.", "luganda": "Bammemba b'ekibiina ekigatta abayizi basobola okwenyigira mu bulimi n'obulunzi" }, { "english": "Partnerships are one of the benefits of being in a student association.", "luganda": "Emikago gye gimu ku miganyulo gy'okubeera mu bibiina by'obwegassi." }, { "english": "Proper guidance from elders is essential for the survival of savings clubs.", "luganda": "Okulungamizibwa obulungi okuva mu bakulu kya nkizo eri okuwangaala kw'ebibiina ebitereka ensimbi." }, { "english": "Poorly performing students need guidance from their lecturers.", "luganda": "Abayizi abasoma obubi beetaaga okulungamya okuva bassaabasomesa baabwe." }, { "english": "Division among club members can lead to the collapse of the club.", "luganda": "Okweyawulayawula mu bammemba b'ekibiina kisobola okuviirako okusaanawo kw'ekibiina." }, { "english": "Information Technology is a major driving force of the economy.", "luganda": "Tekinologiya y'asinga okutambulirwako ebyenfuna." }, { "english": "Student leaders should use their positions to bridge the gap with the administration.", "luganda": "Abakulira abayizi balina okukozesa ebifo byabwe okuggyawo oluwonko wakati w'abayizi n'abakulira essomero." }, { "english": "They were advised not to sell their land.", "luganda": "Baaweebwa amagezi obutatunda ttaka lyabwe." }, { "english": "The chairman requested us to register our land.", "luganda": "Ssentebe yatusabye okuwandiisa ettaka lyaffe." }, { "english": "They did not conclude about selling the land.", "luganda": "Baali tebasobola kuwunzika ku kutunda ettaka." }, { "english": "They own land in Kampala.", "luganda": "Balina ettaka e Kampala." }, { "english": "The church choir acquired new uniforms.", "luganda": "Abayimba b'omu kkanisa baafuna yunifoomu empya." }, { "english": "They were stopped from selling their land.", "luganda": "Baayimirizibwa okutunda ettaka lyabwe." }, { "english": "They bought the land last year.", "luganda": "Ettaka baaligula mwaka guwedde." }, { "english": "I inherited my father's land.", "luganda": "Nnasikira ettaka lya taata wange." }, { "english": "Many families are settling land disputes.", "luganda": "Famire nnyingi zirina enkaayana z'ettaka." }, { "english": "They sold their land.", "luganda": "Baatunda ettaka lyabwe." }, { "english": "Her father insisted on selling their land.", "luganda": "Taata we yalemerako ku kutunda ettaka lyabwe." }, { "english": "Youths had a counselling session.", "luganda": "Abavubuka baabaddeyo n'okubudaabudibwa." }, { "english": "The tombs were constructed for cultural events.", "luganda": "Amasiro gaazimbibwa kutegeka mikolo gya buwangwa." }, { "english": "A new flat will be constructed.", "luganda": "Kkalina empya ejja kuzimbibwa." }, { "english": "Students were taught about culture.", "luganda": "Abayizi baasomesebwa ku byobuwangwa." }, { "english": "Each student was told to buy a book.", "luganda": "Buli muyizi yagambibwa okugula ekitabo." }, { "english": "They are building a school library.", "luganda": "Bazimba tterekero ly'ebitabo ku ssomero." }, { "english": "Many children lack school fees.", "luganda": "Abaana bangi tebalina bisale bya ssomero." }, { "english": "They are fundraising to build a school.", "luganda": "Basonda nsimbi kuzimba ssomero." }, { "english": "They broke down the old buildings.", "luganda": "Baazimbudde ekizimbe ekikadde." }, { "english": "She doesn't respect the culture.", "luganda": "Tassa kitiibwa mu byabuwangwa." }, { "english": "Parents are advised to take their children to school.", "luganda": "Abazadde bakubirizibwa okutwala abaana baabwe ku ssomero." }, { "english": "The late priest was buried yesterday.", "luganda": "Omusumba eyafa yaziikiddwa eggulo." }, { "english": "The president will address us tomorrow.", "luganda": "Pulezidenti ajja kwogerako gye tuli enkya." }, { "english": "He was elected yesterday.", "luganda": "Yalondeddwa eggulo." }, { "english": "The leaders' hand over ceremony is tomorrow.", "luganda": "Omukolo gw'abakulembeze okuwaayo obuyinza gwa nkya." }, { "english": "A court session was held last week.", "luganda": "Olutuula lwa kkooti lwaliyo wiiki ewedde." }, { "english": "I have never met you.", "luganda": "Sikusisinkanangako." }, { "english": "You have never met me either.", "luganda": "Naawe tonsisinkanangako." }, { "english": "Some men were arrested today.", "luganda": "Abasajja abamu baakwatiddwa eggulo." }, { "english": "The judge found them guilty of murder.", "luganda": "Omulamuzi yabasingizizza gw'obutemu." }, { "english": "They reported the case to the police.", "luganda": "Omusango baaguloopa ku poliisi." }, { "english": "Today was my first time meeting him.", "luganda": "Leero gwe gwabadde omulundi gwange ogwasoose okumusisinkana." }, { "english": "We forwarded the issue to the district heads.", "luganda": "Ensonga twagyongerayo ew'abakulu ku disitulikiti." }, { "english": "The suspect was arrested.", "luganda": "Ateeberezebwa yakwatiddwa." }, { "english": "She escaped from prison.", "luganda": "Yatoloka mu kkomera." }, { "english": "There was no evidence of her being beaten.", "luganda": "Tewaaliwo bujulizi nti yakubibwa." }, { "english": "The court session was postponed to next week.", "luganda": "Olutuula lwa kkooti lwayongezebwayo okutuusa wiiki ejja." }, { "english": "The court session was held today.", "luganda": "Olutuula lwa kkooti lwabaddeyo leero." }, { "english": "They travelled a very long distance.", "luganda": "Baatambudde olugendo luwanvu nnyo." }, { "english": "The court session lasted a whole day.", "luganda": "Olutuula lwa kkooti lwamaze olunaku lulamba." }, { "english": "We need a lot of money to carry out more investigations on the case.", "luganda": "Twetaaga ensimbi eziwerako okukola okunoonyereza okulala ku musango." }, { "english": "We have inadequate money.", "luganda": "Tetulina nsimbi zimala." }, { "english": "His car was damaged during the accident.", "luganda": "Emmotoka ye yayonoonebwa mu kabenje." }, { "english": "The suspects escaped from prison.", "luganda": "Abateeberezebwa okuzza omusango baatoloka mu kkomera." }, { "english": "He admitted that he stole the car.", "luganda": "Yakkiriza nti yabba emmotoka." }, { "english": "Other suspects are still being hunted.", "luganda": "Abateeberezebwa abalala bakyayiggibwa." }, { "english": "Many people's cars were stolen.", "luganda": "Emmotoka z'abantu nnyingi zabbibwa." }, { "english": "The car was damaged beyond repair.", "luganda": "Emmotoka eyayonooneddwa tekyazzikawo." }, { "english": "He was requested to say something.", "luganda": "Yasabiddwa okubaako ky'ayogera." }, { "english": "Many people escape from prison lately.", "luganda": "Abantu bangi baatoloka mu kkomera gye buvuddeko." }, { "english": "The meeting ended with a prayer.", "luganda": "Olukiiko lwawedde n'essaala." }, { "english": "The case has not been closed yet.", "luganda": "Omusango tegunnaggalwawo." }, { "english": "More court sessions are yet to be conducted.", "luganda": "Entuula za kkooti endala zaakutuula." }, { "english": "The constitution was revised.", "luganda": "Ssemateeka yakolebwamu ennongoosereza." }, { "english": "They strongly demanded justice.", "luganda": "Yabanja nnyo obwenkanya." }, { "english": "Northern Uganda is an interesting region.", "luganda": "Obukiikakkono bwa Uganda bunyuma." }, { "english": "Men are really respected.", "luganda": "Abasajja mu butuufu bassibwamu ekitiibwa." }, { "english": "Cultural dances are interesting.", "luganda": "Amazina g'obuwangwa ganyuma." }, { "english": "Many musicians turned up for the event.", "luganda": "Abayimbi bangi bazze ku mukolo." }, { "english": "People should be sensitized about cultural beliefs.", "luganda": "Abantu balina okumanyisibwa ku nzikiriza z'obuwangwa." }, { "english": "We had a meeting today.", "luganda": "Tubadde n'olukiiko leero." }, { "english": "The organization of the event was great.", "luganda": "Enteekateeka y'omukolo yabadde nnungi." }, { "english": "Uganda attracts many tourists.", "luganda": "Uganda esikiriza abalambuzi bangi." }, { "english": "Physical features attract tourists.", "luganda": "Ebintu by'obutonde bisikiriza abalambuzi." }, { "english": "We received food relief.", "luganda": "Twafuna obuyambi bw'emmere." }, { "english": "Immigrants are increasing rapidly.", "luganda": "Abayingira mu ggwanga beeyongerera nnyo." }, { "english": "They were informed about the workshop.", "luganda": "Baategeezeddwa ku musomo." }, { "english": "They paid for all the water bills.", "luganda": "Baasasulidde ebisale by'amazzi byonna." }, { "english": "Ugandans are very hospitable.", "luganda": "Bannayuganda baaniriza nnyo." }, { "english": "Many youths have taken up leadership positions.", "luganda": "Abavubuka bangi bafunye ebifo by'obukulembeze." }, { "english": "They have a misunderstanding between them.", "luganda": "Balina obutategeeragana wakati waabwe." }, { "english": "Children should keep in school.", "luganda": "Abaana balina okubeera mu ssomero." }, { "english": "The workshop ended earlier than planned.", "luganda": "Omusomesa gwawedde mangu ku bwe kyali kyateekebwateekebwa." }, { "english": "They discussed leadership.", "luganda": "Baakubaganyizza ebirowoozo ku bukulembeze." }, { "english": "Everyone was rewarded after the workshop.", "luganda": "Buli muntu yaweebwa ekirabo oluvannyuma lw'omusomo." }, { "english": "He asked when the workshop would be held.", "luganda": "Yabuuzizza ddi omusomo lwe guyinza okubaayo." }, { "english": "The entrance fee was really high.", "luganda": "Ssente z'okuyingira mu butuufu zaali nnyingi." }, { "english": "A women empowerment workshop was held today.", "luganda": "Omusomo gw'okusitula abakyala gwabaddeyo leero." }, { "english": "He was very grateful to his parents.", "luganda": "Yasiima nnyo bazadde be." }, { "english": "I listened to her challenges.", "luganda": "Nawulirizza ebimusoomooza." }, { "english": "Girls are advised to learn several skills.", "luganda": "Abawala bakubirizibwa okusoma ebintu eby'enjawulo." }, { "english": "Parents should guide their children.", "luganda": "Abazadde balina okulambika abaana baabwe." }, { "english": "Several leaders attended the workshop.", "luganda": "Abakulembeze ab'enjawulo beetabye mu musomo." }, { "english": "Corrupt officials will be arrested.", "luganda": "Abakulembeze abalya enguzi bajja kukwatibwa." }, { "english": "We shall not have any meetings next month.", "luganda": "Tetujja kubaawo na lukiiko lwonna omwezi ogujja." }, { "english": "He told us to work as a team.", "luganda": "Yatugambye okukolera awamu." }, { "english": "A new committee was elected.", "luganda": "Akakiiko akapya kaalondebwa." }, { "english": "Democracy should be practised.", "luganda": "Demokolasiya alina okuteekebwa mu nkola." }, { "english": "They disrespected me at the party.", "luganda": "Tebampa kitiibwa ku mukolo." }, { "english": "They urged us to respect each other.", "luganda": "Baatusabye okuwangana ekitiibwa." }, { "english": "New employees were recruited.", "luganda": "Abakozi ababya baaleeteddwa." }, { "english": "The corrupt workers were stopped from working.", "luganda": "Abakozi abalya nguzi baayimiriziddwa okukola." }, { "english": "There is no discrimination in my village.", "luganda": "Ku kyalo kyange tekuli kusosola." }, { "english": "My job application was rejected.", "luganda": "Ebbaluwa yange esaba omulimu yagaanibwa." }, { "english": "They declared some new districts this year.", "luganda": "Baalangirira disitulikiti ezimu empya omwaka guno." }, { "english": "People were called for job interviews.", "luganda": "Abantu baayitiddwa okugezesebwa ku mulimu." }, { "english": "They constructed a new bridge.", "luganda": "Baazimba olutindo olupya." }, { "english": "The town centre is not secure enough.", "luganda": "Ekibuga si kitebenkevu ekimala." }, { "english": "Are you self employed?", "luganda": "Wekozesa?" }, { "english": "I keep my money in the bank.", "luganda": "Ntereka ssente zange mu bbanka." }, { "english": "I was forced to resign.", "luganda": "Nakakibwa okuwummula ku mulimu." }, { "english": "People travel long distances to Namugongo to celebrate Martyr's Day", "luganda": "Abantu batambula engendo empanvu okugenda e Namugongo okukuza olunaku lw'abajulizi." }, { "english": "We need to be united even with our different political affiliations", "luganda": "Twetaaga okubeera obumu newankubadde tulina enjawukana mu byobufuzi." }, { "english": "Leaders need to do more to bring services to their constituencies", "luganda": "Abakulembeze beetaaga okukola ennyo okusobola okutuusa empeereza mu bitundu bye bakulembera." }, { "english": "Different political parties need to have a consensus for the country's good", "luganda": "Ebibiina byobufuzi eby'enjawulo byetaaga okuba n'entegeka ku lw'obulungi bw'egwanga." }, { "english": "Regular government inspection is important to ensure service delivery", "luganda": "Okulambula kwa gavumenti kwa mugaso okusobola okufuna obuweereza." }, { "english": "Opposition and government should work together in service delivery", "luganda": "Ab'oludda oluvuganya gavumenti wamu ne gavumenti balina okukolera awamu mu kutuusa empereza." }, { "english": "Areas represented by opposition members rarely get government services", "luganda": "Ebitundu ebikiikirirwa ab'oludda oluvuganya tebitera kufuna buweereza bwa gavumenti." }, { "english": "Incumbents usually win the next election due to their popularity", "luganda": "Abali mu bukulembeze batera okuwangula okulonda okuddako olw'etuttumu lyabwe." }, { "english": "People need to follow up on the progress of district projects", "luganda": "Abantu beetaaga okugoberera ku ntambula ya pulojekiti za disitulikiti." }, { "english": "Party defectors usually don't last long in their new parties", "luganda": "Abawakanya enteekateeka z'ebibiina tebatera kuwangaala mu bibiina byabwe ebipya." }, { "english": "Tribalism is dangerous in politics since it brings about division", "luganda": "Okusosola mu mawanga kwa bulabe mu by'obufuzi olw'okuba kuleetawo enjawukana." }, { "english": "Being a politician means being ready to make sacrifices", "luganda": "Okubeera mu nnabyabufuzi kitegeeza kuba mwetegefu kusaddaaka" }, { "english": "The president often awards his allies with ministerial positions", "luganda": "Pulezidenti atera okuwa abali ku luuyi lwe ebifo by'obwa minisita ." }, { "english": "The government should put more emphasis on vocational schools", "luganda": "Gavumenti erina okuteeka essira ku masomero g'ebyemikono." }, { "english": "Students in rural areas face the problem of travelling long journeys", "luganda": "Abasomi mu bitundu eby'omukyalo bafuna ebizibu eby'okutambula engendo empavu." }, { "english": "Best candidates at the district level are awarded government scholarships", "luganda": "Abayizi abasinga ku ddaala lya disitulikiti baweebwa sikaala za gavumenti." }, { "english": "The government should increase the budget for rural schools", "luganda": "Gavumenti erina okwongera ku mbalirira y'amasomero ag'omu byalo." }, { "english": "Parents and school administration should always work together", "luganda": "Abazadde wamu nabatwala amasomero balina okukolera awamu" }, { "english": "The ministry should reduce registration fees so that more students can sit exams", "luganda": "Minisitule erina okukendeeza ku bisale by'okwewandiisa buli muyizi asobole okutuula ebibuuzo." }, { "english": "Schools should often renovate dormitories to improve student accommodation facilities", "luganda": "Amasomero galina okudaabiriza ebisulo by'abayizi emirundi egisinga okulongoosa ensula y'abayizi ." }, { "english": "It takes effort from both teachers and students to deliver excellent academic performance", "luganda": "Kyetaagisa abasomesa n'abayizi okutekaamu amaanyi okusobozesa ensoma ennungi." }, { "english": "Teachers often use past papers to prepare students for examinations", "luganda": "Abasomesa batera okukozesa ebigezo ebyayita okutegeka abayizi okuyita ebigezo." }, { "english": "Schools should teach vocational skills to their students to fight unemployment", "luganda": "Amasomero galina okusomesa abayizi amasomo g'ebyemikono okulwanyisa ebbula ly'emirimu." }, { "english": "Informal education such as carpentry is good for creating jobs", "luganda": "Enjigiriza etali ya ssomero nga obubazzi nnungi mu kutondawo emirimu." }, { "english": "Religious leaders play an important role in district politics", "luganda": "Abakulembeze b'eddiini bakola omulimu mukulu mu byobufuzi bya disitulikiti." }, { "english": "School fundraisings are often aimed at improving infrastructure", "luganda": "Okusonda kw'amasomero ebiseera ebisinga kuluubirira kutumbula bizimbibwa." }, { "english": "Schools built on a religious foundation are good for instilling morals in their students", "luganda": "Amasomero agazimbidwa kumusingi gw'eddini malungi mu kussa empisa mu bayizi baabwe." }, { "english": "Construction is an expensive sector hence quality assurance is paramount", "luganda": "Okuzimba kintu kya buseere n'olw'ekyo okukuuma omutindo kikulu." }, { "english": "On-campus teacher accommodation is good for student-teacher relations", "luganda": "Okuzimba ennyumba z'abasomesa ku masomero ku masomero kirungi okunyweza enkolagana wakati w'abasomesa n'abayizi." }, { "english": "Churches often fundraise money to renovate their infrastructure", "luganda": "Ekkanisa zitera okusonda ensimbi okuddabiriza ebizimbe byago." }, { "english": "We always need to reflect and thank God for what he has done for us", "luganda": "Bulijjo twetaaga okwefumiitiriza ne twebaza Katonda olw'ebyo byatukoledde." }, { "english": "Christians need to come together in prayer during this pandemic", "luganda": "Abakrisitaayo beetaaga okukungaana awamu mu ssaala mu kirwadde bbunansi kino." }, { "english": "We are all Ugandans even with our religious differences", "luganda": "Ffenna tuli bannayuganda newankubadde tulina enzikiriza ez'enjawulo." }, { "english": "Churches should run tree-planting campaigns to preserve the environment", "luganda": "Amakanisa galina okussawo enkola y'okusimba emiti okukuuma obutonde." }, { "english": "Sunday school services have been suspended due to the pandemic", "luganda": "Amasomero g'abaana ku makanisa gawereddwa olw'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "Church communities should engage in developmental projects such as piggery", "luganda": "Ebibiina mu makanisa birina okwenyigira mu pulojekiti ezikulaakulanya nga ey'okulunda embizzi." }, { "english": "Christians should donate to their church communities for church projects", "luganda": "Abakulisitaayo balina okuwaayo mu bibiina byabwe okuwagira pulojekiti z'ekkanisa." }, { "english": "People in business and the church should join hands and start developmental projects", "luganda": "Abantu mu bizinensi ne mu kkanisa balina okukolera ewamu ne batandikawo pulojekiti ezikulaakulanya." }, { "english": "East African countries should work together on matters of trade", "luganda": "Ensi z'omu bugwanjuba bwa Africa zirina okukolera awamu mu nsonga z'ebyobusuubuzi." }, { "english": "Churches need regular donations to run their activities", "luganda": "Amakanisa geetaaga obuyambi buli kaseera okuddukanya emirimu gyazo." }, { "english": "People should donate land for church projects such as agriculture", "luganda": "Abantu balina okuwaayo ettaka eri pulojekiti z'ekkanisa ng'obulimi n'obulunzi" }, { "english": "We need to be united in christ so we can live holy lives", "luganda": "Twetaaga okuba obumu mu Krisito tusobole okubeera mu bulamu obutukuvu." }, { "english": "Church staff require nearby accommodation for easy access to the church", "luganda": "Abakozi b'omu kkanisa beetaaga okusula okumpi bayanguyirwe okutuuka ku kkanisa." }, { "english": "Most church buildings need to be renovated.", "luganda": "Ebizimbe by'amakanisa ebimu byetaaga kuddaabirizibwa." }, { "english": "Some health workers have been accused of stealing government drugs.", "luganda": "Abasawo abamu bavunaaniddwa ogw'okubba eddagala lya gavumenti." }, { "english": "Drug theft in hospitals leads to drug shortages.", "luganda": "Obubbi bw'eddagala mu malwaliro buleetera ebbula ly'eddagala." }, { "english": "Some hospital staff vandalise equipment to swindle funds for new purchases.", "luganda": "Abakozi b'amalwaliro abamu bonoona ebikozesebwa basobole okufuna obuyambi bw'ebintu ebipya." }, { "english": "Regional hospitals often lack funds to run their activities.", "luganda": "Amalwaliro g'ebitundu gatera okubula ebikozesebwa okuddukanya emirimu gyago." }, { "english": "Most corrupt officials find a way of escaping justice by burying evidence.", "luganda": "Abakungu abali b'enguzi abasinga banoonya engeri y'okudduka obwenkanya nga baziika obujulizi." }, { "english": "Hospital top management should do more to fight corruption in hospitals.", "luganda": "Abatwala eddwaliro ab'okuntikko balina okukola ennyo okulwanyisa enguzi mu malwaliro." }, { "english": "Health officials should have a good relationship with the people they serve", "luganda": "Abasawo balina okubeera n'enkolagana ennungi n'abantu be baweereza." }, { "english": "People don't trust doctors who work in community clinics.", "luganda": "Abantu tebeesiga basawo abakolera mu malwaliro g'ebitundu." }, { "english": "Health officials need to be regularly audited to fight corruption.", "luganda": "Abasawo balina okubalirirwa entakera okulwanyisa enguzi." }, { "english": "It's a good idea to install spies in government hospitals to investigate corruption.", "luganda": "Kirowoozo kirungi okuteeka bambega mu malwaliro ga gavumenti okunoonyereza ku buli bw'enguzi." }, { "english": "Ugandans should be sensitized on how they can help reduce corruption in hospitals.", "luganda": "Bannayuganda balina okumanyisibwa ku butya bwe bayinza okukendeeza enguzi mu malwaliro." }, { "english": "Top health officials should champion the fight against corruption in hospitals.", "luganda": "Abasawo ab'okuntikko balina okukulemberamu okulwanyisa enguzi mu malwaliro." }, { "english": "Hospital equipment should be regularly maintained for better service.", "luganda": "Ebikozesebwa mu ddwaliro birina okulabirirwa entakera olw'obuweereza obulungi." }, { "english": "Surveillance cameras should be installed to fight health equipment theft.", "luganda": "Obukuumi bulina okuteekebwawo okulwanyisa obubbi bw'ebintu ebyeyamisibwa mu kujjanjaba." }, { "english": "Stolen equipment is usually resold on the black market.", "luganda": "Ebintu ebibbibwa bitera okuddamu ne bitundibwa ku bbeeyi etakkirizibwa mu mateeka." }, { "english": "Corrupt health officials should be severely punished by seizing their assets.", "luganda": "Abasawo abalya enguzi balina okubonerezebwa ddala nga babowa ebintu byabwe." }, { "english": "The state should protect whistleblowers who report corruption.", "luganda": "Gavumemti erina okutaasa abaloopa obuli bw'enguzi." }, { "english": "Clear financial loss due to corruption needs to be reported by the authorities.", "luganda": "Okufiirwa mu by'enfuna okweyolekerawo olw'obuli bw'enguzi kwetaaga okuloopebwa mu b'obuyinza." }, { "english": "Proper investigation measures need to be put in place to fight drug theft.", "luganda": "Emitendera gy'okunoonyereza emirungi gyetaaga okuteekebwawo okulwanyisa obubbi bw'eddagala." }, { "english": "There are allegations of doctors stealing and selling drugs to private pharmacies.", "luganda": "Waliwo ebyogerebwa eby'abasawo okubba n'okutunda eddagala mu matundiro g'eddagala ag'obwannannyini." }, { "english": "There's a lack of enough specialists in the medical field.", "luganda": "Waliwo ebbula ly'abakugu mu kisaawe ky'ebyobulamu." }, { "english": "The government should construct more maternity health facilities.", "luganda": "Gavumenti erina okuzimbawo ebifo ebirala awazaalirwa." }, { "english": "Lack of enough funding greatly affects regional hospitals in rural Uganda.", "luganda": "Ebbula ly'ebyetaagisa ebimala likosa nnyo amalwaliro g'omu bitundu mu byalo bya Uganda." }, { "english": "More transparency is needed to account for procured health equipment.", "luganda": "Obwerufu obusingako bwetaagisa okubalirira ebintu ebikozesebwa mu bujjanjabi ebifunibwa." }, { "english": "Anti-corrupt officials need to find ways of not being corrupted themselves.", "luganda": "Abakungu abalwanyisa obuli bw'enguzi beetaaga okunoonya engeri z'obutalya nguzi nga bo." }, { "english": "More scholarships should be awarded to needy students to grow our health workforce.", "luganda": "Sikaala endala zirina okuweebwa abayizi abali mu bwetaavu okukuza enkola yaffe mu byobulamu." }, { "english": "Students need to be educated about the various scholarship opportunities available.", "luganda": "Abayizi beetaaga okusomesebwa ku mikisa gya sikaala egiriwo." }, { "english": "Students offering arts subjects should also be catered for regarding scholarships.", "luganda": "Abayizi akola amasomo ga atisi nabo balina okufiibwako bwe kituuka ku sikaala." }, { "english": "Parents have a stake in discussing student sponsorship facilitation.", "luganda": "Abazadde balina kye bakola mu kukubaganya ebirowoozo mu kuvujjirira ku sizaala y'omuyizi." }, { "english": "Lack of information leads to low scholarship applications in rural areas.", "luganda": "Obutafuna bubaka kireetera okusaba sokaala okuba wansi mu bitundu by'ebyalo." }, { "english": "Higher education is expensive which leads to increased school dropouts.", "luganda": "Okusoma okwa waggulu kwa buseere ekireetera abawanduka mu masomero okweyongera." }, { "english": "Student scholarships should be extensively advertised so that nobody misses out.", "luganda": "Sikaala z'abayizi zirina okulangibwa ennyo waleme kubaawo asubwa." }, { "english": "Most scholarships for higher learning are offered in government institutions.", "luganda": "Sikaala ezisinga mu kusoma okwa waggulu zitera kugabibwa mu matendekero ga gavumenti." }, { "english": "Rural students need to be given access to scholarship information.", "luganda": "Abayizi b'omu byalo balina okuweebwa obubaka ku sikaala." }, { "english": "The government needs to do more on ensuring rural education quality is stepped up.", "luganda": "Gavumenti erina okukola ennyo okulaba nti omutindo gw'okusoma mu byala gutumbulwa." }, { "english": "Various stakeholders have discussed how best to enrol more students under scholarships.", "luganda": "Abakwatibwako ab'enjawulo bakubaganyizza ebirowoozo ku butya bwe bayinza okwongera ku bayizi abali ku sikaala." }, { "english": "Good nutrition helps children grow and be active at school.", "luganda": "Endya ennungi eyamba abaana okukula obulungi n'okuba ajagujagu ku ssomero." }, { "english": "A balanced diet is essential for proper child growth.", "luganda": "Emmere erimu ebirungo byonna nnungi mu kukula kw'omwana." }, { "english": "More sensitization is needed to educate parents on proper child feeding.", "luganda": "Okumanyisibwa kungi kwetaagisa okusomesa abazadde ku ndya y'abaana ennungi." }, { "english": "Schools need to revise their meal plans and feed students on a balanced diet.", "luganda": "Amasomero geetaaga okuddamu okutunula mu nteekateeza z'ebiriibwa bawe abayizi emmere erimu ebirungo byonna." }, { "english": "Regular sensitization is a measure to eliminate malnutrition in families.", "luganda": "Okumanyisibwa entakera luwenda lw'okumalawo endya embi mu maka." }, { "english": "A balanced diet isn't something for only the rich but is a fundamental right.", "luganda": "Emmere erimu ebirungo byonna si kintu eky'abagagga bokka wabula ddembe lya buli omu." }, { "english": "Good feeding is essential for a student's academic performance.", "luganda": "Endya ennungi ya nkizo mu kusoma kw'abayizi." }, { "english": "Foods rich in proteins are good for body growth and are essential in a balanced diet.", "luganda": "Emmere ezimba omubiri nnungi mu kukula kw'omubiri era ya nkizo mu mmeere erimu ebirungo byonna." }, { "english": "Agricultural projects such as piggery have proved to be beneficial to communities.", "luganda": "Pulojekiti z'obulimi nga okulunda embizzi zoolese nti za muganyulo eri ebitundu." }, { "english": "There's a digital divide between people living in towns and those in remote areas.", "luganda": "Waliwo okugabanyizibwamu mu bantu ababeera mu bibuga n'abomu byalo bwe kituuka ku mayengo." }, { "english": "Regular antenatal visits are essential for expectant mothers.", "luganda": "Okukyalira ebifo awalabirirwa ab'embuto kya nkizo eri bamaama ab'embuto." }, { "english": "People are advised to eat protein-rich foods such as meat and fish.", "luganda": "Abantu baweebwa amagezi okulya erimu ebirungo ebizimba omubiri ng'ennyama n'ebyennyanja." }, { "english": "Malnutrition results in stunted growth among children and adults", "luganda": "Endya mbi ereetera okuzingama mu baana n'abantu abakulu." }, { "english": "Research should be done on how to address the issue of malnutrition.", "luganda": "Okunoonyereza kulina okukolebwa ku butya ensonga y'endya embi gy'erina okumalibwawo." }, { "english": "Demonstration farms have proven to be important for agricultural research.", "luganda": "Ennimiro eziyigirizibwako zoolese nti za mugaso mu kunoonyere za ku byobulimi." }, { "english": "More funds should be allocated to Agricultural research to ensure food security.", "luganda": "Obuyambi obusinga bulina kuteekebwa mu kunoonyereza ku byobulima okusobola okulaba nti waliwo emmere emala." }, { "english": "Cultural leaders can be used to sensitize their communities on proper nutrition.", "luganda": "Abakulembeze mu buwangwa basobola okukozesebwa okusomesa abantu baabwe ku ndya ennungi." }, { "english": "More effort should be put in to address malnutrition in rural areas.", "luganda": "Amaanyi mangi galina okutekebwamu okumalamu endya embi mu byalo." }, { "english": "Cancer remains a silent killer in Uganda; therefore we should all be screened.", "luganda": "Kkookolo asigala nga atta abantu mu kimugunyu mu Uganda n'olw'ekyo tulina okukeberebwa." }, { "english": "Breast cancer sensitization can be done in schools to reach larger groups of girls.", "luganda": "Okumanyisibwa ku kkookola w'amabeere kusobola okukolebwa mu masomero okutuuka ku bibinja by'abawala ebinene." }, { "english": "Cancer patients from villages find it hard to go to the Uganda Cancer Institute.", "luganda": "Abalwadde ba kkookolo okuva mu byalo bakaluubirizibwa okugenda ku ddwaliro lya kkookolo." }, { "english": "The ministry of health needs to establish a regional cancer institute.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu yeetaaga okuteekawo eddwaliro lya kkookolo mu kitundu." }, { "english": "The district needs to obtain land for the establishment of the institute.", "luganda": "Disitulikiti yeetaaga okufuna ettaka okussaako ekifo." }, { "english": "The district leaders have to be united to improve service delivery.", "luganda": "Abakulembeze ku disitulikiti balina okuba bumu okutumbula obuweereza." }, { "english": "People need to go for medical check-ups frequently.", "luganda": "Abantu beetaaga okugendanga okukeberebwa buli kaseera." }, { "english": "There is another type of cancer but it mostly affects children.", "luganda": "Waliwo ekika kya kkookolo ekirala naye kisinga kukwata baana." }, { "english": "The district has increased its efforts to fight off cancer.", "luganda": "Disitulikiti eyongeddemu amaanyi okumalawo kkookolo." }, { "english": "The district leaders agreed to establish a regional cancer institute.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti bakkaanyizza okusaawo eddwaliro lya kkookolo mu kitundu." }, { "english": "The leaders should inform people about the causes of cancer.", "luganda": "Abakulembeze balina okutegeeza abantu ku bireeta Kkookolo." }, { "english": "The president directed the ministry to decentralise health services.", "luganda": "Pulezidenti yalagidde minisitule okugabanyaamu obuweereza by'ebyobulamu." }, { "english": "Cancer institutes will be established in different districts.", "luganda": "Amalwaliro ga Kkookolo gajja kuzimbibwa mu zi disitulikiti ez'enjawulo." }, { "english": "The ministry should provide cancer facilities and limit cancer cases in the country.", "luganda": "Minisitule erina okuteekawo ebikozesebwa okujjanjaba Kkookolo n'okukendeeza ku bakwatibwa Kkookolo mu ggwanga." }, { "english": "People rarely go for cancer screening which affects their lives.", "luganda": "Abantu tebatera kugenda kwekebeza kookolo ekikosa obulamu bwabwe." }, { "english": "Cancer affects all people and does not discriminate.", "luganda": "Kkookolo akosa bantu bonna era tasosola." }, { "english": "The district leaders should properly plan for the district.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti balina okuteekerateekera bulungi disitulikiti." }, { "english": "The district has to compensate people before undertaking any projects on their land.", "luganda": "Disitulikiti erina okuliyirira abantu nga tennaba kutwala pulojekiti yonna ku ttaka lyabwe." }, { "english": "The people used legal procedures to stop construction.", "luganda": "Abantu baayita mu mitendera gy'amateeka okukomya okuzimba." }, { "english": "The government has provided income for the reconstruction of roads in the area.", "luganda": "Gavumenti ewaddeyo ssente okuddamu okuzimba enguudo mu kitundu." }, { "english": "Funds were allocated for consultation purposes.", "luganda": "Ssente zaateekebwa ku kuzimba." }, { "english": "There will be an improved transport network.", "luganda": "Wajja kubaawo enkulaakulana mu by'entambula." }, { "english": "People should be compensated before any road construction takes place.", "luganda": "Abantu balina okuliyirirwa ng'okuzimba oluguudo lwonna tekunnatandika." }, { "english": "People need compensation to relocate to other areas.", "luganda": "Abantu beetaaga okuliyirirwa bagenda mu bifo ebirala" }, { "english": "Construction work will not commence unless all stakeholders are satisfied.", "luganda": "Okuzimba tekujja kutandika okuggyako nga be kikwatako bonna bamatidde." }, { "english": "People should be involved in decision making.", "luganda": "Abantu balina okwetaba mu kukola okusalawo." }, { "english": "Construction will take place without encroaching on people's land.", "luganda": "Okuzimba kujja kubaawo ewatali kuyingirira ttaka ly'abantu." }, { "english": "People should embrace the development because it comes with positive aspects and impacts.", "luganda": "Abantu balina okwaniriza enkulaakulana kuba ejja n'ebirungi." }, { "english": "There should be a consensus between the district leaders and the local people.", "luganda": "Walina okubaawo okukkaanya wakati w'abakulembeze ba disitulikiti n'abantu ba bulijjo." }, { "english": "The ministry of tourism has launched the story about Idi Amin.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulambuzi etongozza emboozi ku Idi Amin." }, { "english": "The public wants a detailed history of the former Ugandan presidents.", "luganda": "Abantu baagala okumanya ebyafaayo ebirambulukufu ku bapulezidenti ba Uganda abaavaako." }, { "english": "The foreigners were giving a forged history about the presidents.", "luganda": "Abagwira baali bawa ebyafaayo ebijingirire ku bapulezidenti." }, { "english": "The history was obtained from the records and archives of the national television.", "luganda": "Ebyafaayo byafunibwa okuva mu byawandiikibwa n'ewaterekebwa ebintu bya terefayina y'eggwanga ." }, { "english": "The people of Arua wanted to remember the history of the former president.", "luganda": "Abantu b'omu Arua baayagadde okujjukira ebyafaayo bya pulezidenti eyavaako." }, { "english": "The exhibition looks at embracing the history of Amin and appreciating culture.", "luganda": "Omwoleso gulabika nga gukkiriza ebyafaayo bya Amin n'okusiima ebyobuwangwa." }, { "english": "There will be a construction of the museum in the area.", "luganda": "Waggya kubaawo okuzimba ekkaddiyizo mu kitundu." }, { "english": "The effort is made to promote tourism culture history and business at large.", "luganda": "Amaanyi agatekeddwamu okutumbula ebyobulambuzi ebyobuwangwa ebyafaayo n'ebyobusuubuzi okutwalira awamu." }, { "english": "The district will secure land for the construction of the museum.", "luganda": "Distulikiti ejja kufuna ettaka ery'okuzimbako ekkaddiyizo." }, { "english": "The committee explained on television how they would conduct the elections.", "luganda": "Akakiiko kannyonnyodde ku terefayina ku butya bwe kayinza okuwasaganyaamu okulonda." }, { "english": "People have focused on Amin because of his character and what he stood for.", "luganda": "Abantu essira balitadde ku Amin olw'enneeyisa ye ne bye yayimirirangako." }, { "english": "The exhibition was about informing people about the history of Uganda.", "luganda": "Omwoleso gwabadde gukwata ku kutegeeza abantu ku ebyafaayo bya Uganda." }, { "english": "Some roads should be named after presidents.", "luganda": "Enguudo ezimu zirina okubbulwamu bapulezidenti." }, { "english": "The people of West Nile have contributed greatly towards the development of Uganda.", "luganda": "Abantu b'omu West Nile bakoze omulimu gwa maanyi ku nkulaakulana ya Uganda." }, { "english": "The minister pledged to provide the museum with the Lugbara calendar.", "luganda": "Minisita yeeyamye okuwa ekkaddiyizo kalenda y'Olugubala." }, { "english": "The historians should organise the history of Uganda because it is rich and unique.", "luganda": "Bannabyafaayo balina okutegeka ebyafaayo bya Uganda kubanga bigagga ate bya njawulo." }, { "english": "The anniversary of Onduparaka football club will be presided over by the President.", "luganda": "Okujaguza kw'okutandikibwawo kwa ttiimu y'omupiira eya Onduparaka kujja kukulemberwamu pulezidenti." }, { "english": "The celebrations will take place in February.", "luganda": "Ebikujjuko bijja kubaawo mu Mukutulansanja." }, { "english": "The chief guest will be President Museveni.", "luganda": "Omugenyi omukulu ajja kuba pulezidenti Museveni." }, { "english": "The celebrations will involve a series of activities.", "luganda": "Ebikujjuko bijja kubaamu emirimu egy'enjawulo." }, { "english": "People within the area will play football games on the day.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu bajja kuzannya omupiira gw'ebigere kw'olwo." }, { "english": "The club will launch its strategic plan anthem and the bus project.", "luganda": "Ttiimu ejja kutongoza enteekateeka yaayo oluyimba ne bbaasi." }, { "english": "Everyone should jubilate because this football team belongs to this community.", "luganda": "Buli omu alina okujaguza kubanga eno tiimu y'omupiira gw'ebigere ya mu kitundu kino." }, { "english": "The club is the pride of West Nile.", "luganda": "Ttiimu kye kitiibwa kya west Nile" }, { "english": "People's businesses rotate around the club.", "luganda": "Bizinensi z'abantu zeetooloolera ku ttiimu." }, { "english": "The club will address all the challenges it is facing.", "luganda": "Ttiimu ejja kukola ku kusoomoozebwa kwonna kw'esanga." }, { "english": "Onduparaka has been able to sustain itself in the Uganda premier league.", "luganda": "Onduparaka esobodde okwenyereza mu Uganda premier league." }, { "english": "Efficient workers increase the level of production.", "luganda": "Abakozi abalungi bongeza eddala kwe bakolera." }, { "english": "The resident district commissioner confirmed the presence of the head of state.", "luganda": "Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti yakakasizza okubaawo kwa pulezidenti." }, { "english": "The district leaders and the security officers are working together to secure the area.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti n'abakuumaddembe bakolera wamu okukuuma ekitundu." }, { "english": "Many people will attend the celebrations.", "luganda": "Abantu bangi bajja kwetaba ku bikujjuko." }, { "english": "The president will address the challenges faced by the club.", "luganda": "Pulezidenti ajja kukola ku bisoomooza ttiimu by'eyitamu." }, { "english": "The president will support the club where they are lacking.", "luganda": "Pulezidenti ajja kuyamba ttiimu we zitubidde." }, { "english": "The event has become both social and political.", "luganda": "Omukolo gufuuse gwa kutabagana na byabufuzi." }, { "english": "There should not be any discrimination because of differences in political affiliations.", "luganda": "Tewalina kubaawo kusosolwa kwonna olw'enjawukana mu z'ebyobufuzi." }, { "english": "The district is looking at conserving nature and preserving the environment.", "luganda": "Disitulikiti etunuulidde kutaasa butonde n'okukuuma embeerabantu." }, { "english": "The ministry of water and environment initiated the program.", "luganda": "Minisitule y'amazzi n'obutonde yatandiseewo pulogulaamu." }, { "english": "The process has to be approved by the parliament.", "luganda": "Enkwajja erina okukakasibwa olukiiko lw'eggwanga olukulu." }, { "english": "The council has to ensure proper valuation and evaluation of the land.", "luganda": "Akakiiko kalina okukakasa embalirira y'ettaka entuufu." }, { "english": "People have to be involved in decision making and have to be consulted.", "luganda": "Abantu balina okwetaba mu kukola okusalawo era balina okwebuuzibwako." }, { "english": "The council approved the appointment of new members.", "luganda": "Akakiiko kakakasizza okulondebwa kwa bammemba abapya." }, { "english": "How can we influence the ongoing activities?", "luganda": "Tuyinza tutya okuyamba ku mirimu egigenda mu maaso?" }, { "english": "The swamp will be fenced to conserve nature.", "luganda": "Olutobazi lujja kussibwako olukomera okukuuma obutonde." }, { "english": "The city will be comprised of high levels of technology.", "luganda": "Ekibuga kijja kubaamu tekinologiya ow'ekika ekya waggulu." }, { "english": "A education centre will be established to facilitate research and new technological developments.", "luganda": "Ekifo ky'ebyenjigiriza kijja kutandikibwawo okusobozesa okunonyereza n'okutumbula tekinologiya omupya." }, { "english": "The city will enhance business activity in Arua.", "luganda": "Ekibuga kijja kuyambako okutumbula eby'obusuubuzi mu Arua." }, { "english": "There will be a market for goods and services from within and outside the country.", "luganda": "wajja kubeerawawo akatale k'eby'amaguzi n'obuweereza okuva munda n'ebweru w'eggwanga." }, { "english": "The government has facilitated infrastructural development in Arua.", "luganda": "Gavumenti eyambyeko enkulaakulana mu Arua." }, { "english": "People should work together to develop.", "luganda": "Abantu balina okukolere awamu okukulaakulana." }, { "english": "The district has provided land for the project.", "luganda": "Disitulikiti ewaddeyo ettaka lya pulojekiti." }, { "english": "The meeting was cancelled because the speaker was sick.", "luganda": "Olukiiko lwasazidwamu kubanga omukubiriza yabadde mulwadde." }, { "english": "The council was looking for remedies to solve the existing challenges.", "luganda": "Akakiiko kaabadde kanoonya engeri z'okumalawo okusoomoozebwa okuliwo." }, { "english": "The meeting started with the national anthem.", "luganda": "Olikiiko lwatandise n'oluyimba lw'eggwanga." }, { "english": "The meeting ended after the speaker declared that he was sick.", "luganda": "Olukiiko lwakomekkerezeddwa oluvannyuma lw'omukubiriza okugamba nti yabadde mulwadde." }, { "english": "The speaker apologised and adjourned the meeting.", "luganda": "Omukubiriza yeetonzo n'akomekkereza olukiiko." }, { "english": "The members had no idea of the speaker's sickness.", "luganda": "Bammemba tebaalina ndowooza yonna ku bulwadde bw'omukubiriza w'olukiiko." }, { "english": "The speaker's sickness was abrupt.", "luganda": "Obulwadde bw'omukubiriza w'olukiiko bwali bwa kibwatukira." }, { "english": "Members claimed that the speaker should be effective and efficient.", "luganda": "Bammemba beemulugunya nti omukubiriza ateekeddwa okuba omulungi era ey'esigika." }, { "english": "There is poor communication at the municipality.", "luganda": "Waliwo empuliziganya embi ku munisipaali." }, { "english": "The speaker's actions are dishonouring the council.", "luganda": "Ebikolwa by'omwogezi bivvoola ekitiibwa ky'olukiiko." }, { "english": "The speaker is disorganised and irresponsible.", "luganda": "Omwogezi tategeerekeka era talina buvunaanyizibwa." }, { "english": "The speaker should have informed the clerk if he was to be in absentia.", "luganda": "Omwogezi yanditegezezza omuwandiisi nga bwe yali tagenda kubeerawo." }, { "english": "The council needs to act very fast.", "luganda": "Akakiiko keetaaga okusalawo amangu ennyo." }, { "english": "The forest was harbouring criminals.", "luganda": "Ekibiira kyali kyekwekebwamu abazzi b'emisango." }, { "english": "The deputy should take charge if the speaker has not recovered.", "luganda": "Omumyuka alina okutwala obuvunaanyizibwa singa omwogezi aba tannawona." }, { "english": "A new meeting should be rescheduled.", "luganda": "Olukiiko oluggya lulina okuddamu okutegekebwa." }, { "english": "The planned meeting had to approve the budget.", "luganda": "Olukiiko olwategekedda lwabadde lulina okukakasa embalirira" }, { "english": "The ministry authorised the municipal council to observe and coordinate the underlying activities.", "luganda": "Minisitule yakkiriza akakiiko ka munisipaali okwetegereza n'okukwasaganya emirimu egikolebwa." }, { "english": "Christians have come together to construct a perimeter wall.", "luganda": "Abakrisitaayo bazze wamu okuzimba ekikomera." }, { "english": "The wall will be a centre for business activities.", "luganda": "Ekisenge kijja kuba entabiro y'ebyobusuubuzi." }, { "english": "Most of the required bricks were laid by the Christians.", "luganda": "Amataffaali agasinga ageetaagibwa kaakubibwa bakulisitaayo." }, { "english": "Every chapel will provide a specific number of bricks.", "luganda": "Buli ssinzizo lijja kuleeta omuwendo gw'amatoffaali ogwetaagibwa." }, { "english": "The people were given confidence after the priest brought items for fundraising.", "luganda": "Abantu bafunye okwekkiririzaamu oluvannyuma lw'omudyankoni okugula ekintu ekyasoose mu kusonda." }, { "english": "We buy goods and sell them at a profit.", "luganda": "Tugula ebyamaguzi ne tubitunda okufuna amagoba." }, { "english": "Some church activities require funding.", "luganda": "Emirimu gy'ekkanisa ng'egyo gyetaaga obuvujjirizi." }, { "english": "Most youths love music.", "luganda": "Abavubuka abasinga baagala ennyimba." }, { "english": "Christian donors usually donate to support the church.", "luganda": "Abavvujjirizi abakrisitaayo bagaba okuyamba ekkanisa bulijjo." }, { "english": "Constant reminders are a great tactic of mobilisation.", "luganda": "Okujjukizibwa okutasalako kakodya ak'enkizo mu kukubiriza." }, { "english": "Any amount of money given up for support is taken as a contribution.", "luganda": "Omuwendo gwonna oguweebwayo okuwagira gutwalibwa nga ekiweebwayo." }, { "english": "We cannot forever rely on foreign donors.", "luganda": "Tetusobola kubaawo lubeerera nga twesigamye ku buyambi okuva ebweru w'eggwanga." }, { "english": "Theft is a criminal offence.", "luganda": "Obubbi musango gwa nnaggomola." }, { "english": "Sometimes stolen items are recovered by the authorities.", "luganda": "Ebiseera ebimu ebintu ebibbibwa bizuulibwa aboobuyinza." }, { "english": "Cattle keepers rear cattle.", "luganda": "Abalaalo balunda ente." }, { "english": "Thieves are detained at the police station.", "luganda": "Ababbi bakuumibwa ku sitesoni ya poliisi." }, { "english": "The law punishes wrongdoers.", "luganda": "Amateeka gabonereza abakozi b'ebikolobero." }, { "english": "The dry season is not favourable for the animals.", "luganda": "Ebiseera by'omusana si birungi eri ebisolo." }, { "english": "If you do not abide by the law you might be arrested.", "luganda": "Bw'otagondera mateeka oyinza okusibibwa." }, { "english": "Do not sympathise with criminals.", "luganda": "Tosasira bakozi ba bikolobero." }, { "english": "What is the meaning of nepotism?", "luganda": "Ekikolwa ky'okukozesa ekifo mu kufuna eby'etaago kye ki?" }, { "english": "What makes one be considered a professional?", "luganda": "Kiki ekiretera omuntu okutwalibwa nga omukugu?" }, { "english": "Professionals have experience in what they do and are academically qualified.", "luganda": "Abakugu balina obumanyirivu mu ebyo bye bali ne mu ebyo bye baasomerera." }, { "english": "Opportunities for businesses lead to economic growth.", "luganda": "Emikisa gyeby'obusuubuzi gireeta enkulaakulana mu by'enfuna.." }, { "english": "When given a job you must be willing to work.", "luganda": "Bw'owebwa omulimu olina okuba nga wewaayo okukola." }, { "english": "Nepotists only give jobs to those close to them.", "luganda": "Abasosoze bawa abo bokka be bamanyi emirimu." }, { "english": "We are all human beings so let us love one another.", "luganda": "Ffena tuli bantun'olwekyo twagalane." }, { "english": "Unity leads to development.", "luganda": "Obumu buleeta enkulakulana." }, { "english": "Lack of unity can hinder progress.", "luganda": "Obutali bumu bulemesa enkulaakulana." }, { "english": "Everyone holds expectations of the future.", "luganda": "Buli omu alina byasubira mu biseera ebijja." }, { "english": "Do not rush to make decisions.", "luganda": "Topapa kukola kusalawo." }, { "english": "It is normal for people to disagree about something.", "luganda": "Kya bulijjo abantu obutakkaanya ku nsonga ezimu" }, { "english": "The effort is being made to improve service delivery.", "luganda": "Kaweefube akolebwa okulongoosa mu mpereza." }, { "english": "Locals can help prevent crime by reporting wrongdoers.", "luganda": "Abantu basobola okutangira obuzzi bw'emisango nga baloopa abakozi b'ebikolobero." }, { "english": "Why should people continue to kill and rob others?", "luganda": "Lwaki abantu bongera okutta n'okubba abalala?" }, { "english": "Sometimes people know the fellow residents that cause insecurity in the area.", "luganda": "Ebiseera ebimu abantu bamanyi batuuze bannabwe abaleeta obutali butebenkevu mu kitundu." }, { "english": "The resident district commissioner manages activities at a district level.", "luganda": "Omubaka w'omukulembeze w'egwanga yakwasaganya ebikolebwa ku mutendera gwa disitulikiti." }, { "english": "The military men are assembling in their barracks.", "luganda": "Abassajja bamagye basimbye enyiriri mu barracks." }, { "english": "History is not usually forgotten.", "luganda": "Ebyafaayo tebitera kwelabirwa." }, { "english": "Liberty comes along with lots of benefits.", "luganda": "Eddembe lijjirako ebirungi bingi." }, { "english": "The major gave a wonderful speech.", "luganda": "Munamagye ku daala lya mmeeja yayogera bulungi." }, { "english": "Robbery and killings cause insecurity in the area.", "luganda": "Obubbi n'obutemu bireeta obutali butebenkevu mu kitundu." }, { "english": "One has to be legally permitted to own a gun in Uganda.", "luganda": "Omuntu ayina okukirizibwa mu mateeka okubeera ne mmundu mu Uganda." }, { "english": "Motorcycles are easily stolen.", "luganda": "Ppikipiki nnyangu za kubba." }, { "english": "The police give custody to suspects.", "luganda": "Poliisi ewa obukuumi abateeberezebwa okuzza emisango." }, { "english": "The celebrations comprised of both the army and the civilians.", "luganda": "Ebikujjuko byetabiddwamu amagye n'abantu ba bulijjo." }, { "english": "How can we improve security in an area?", "luganda": "Tuyinza tutya okutumbula eby'okwerinda mu kitundu." }, { "english": "People usually know a lot of things in their surrounding.", "luganda": "Abantu batera okumanya ebintu bingi ebibeetoolodde." }, { "english": "What can disrupt one's peace?", "luganda": "Kiki ekisobola okutaataaganya eddembe ly'omuntu?" }, { "english": "Criminals not only rob but also take away people's peace.", "luganda": "Abakozi b'ebikolobero tebabba kyokka wabula nokumalawo eddembe ly'abantu." }, { "english": "The authorities searched for those that would be owning guns illegally.", "luganda": "Aboobuyinza baanoonya abo abayinza okuba n'emmundu mu bumenyi bw'amateeka." }, { "english": "Different groups of people once in a while come up to do community work.", "luganda": "Olumu ebibinja by'abantu ebyenjawulo bijja okukola emirimu gy'ekitundu." }, { "english": "What is found in the aid kits?", "luganda": "Kiki ekisangibwa mu kabookisi k'obuyambi?" }, { "english": "Ear infections are very rare.", "luganda": "Obulwadde bw'amatu tebutera kusangibwa." }, { "english": "He received treatment from the doctor yesterday.", "luganda": "Yafunye obujjanjabi okuva ew'omusawo eggulo." }, { "english": "The deaf can hear through the hearing aid kits.", "luganda": "Ba kiggala basobola okuwulira nga bayita mu buuma obubayamba okuwulira." }, { "english": "One that hears can easily learn how to speak.", "luganda": "Oyo asobola okuwulira ayanguyirwa okuyiga okwogera." }, { "english": "Deafness can be healed.", "luganda": "Obwa kiggala busobola okuwonyezebwa." }, { "english": "What could cause one to lose their hearing sense?", "luganda": "Kiki ekiyinza okuletera omuntu okulekerawo okuwulira?" }, { "english": "Hearing aids have done wonders for the deaf.", "luganda": "Obuuma obuyamba ba kiggala okuwulira bukoze ebyewuunyo eri ba kiggala." }, { "english": "Some disorders can be inherited.", "luganda": "Obulemu obumu busobola okuba nga bwa nsikirano." }, { "english": "How much does a hearing aid kit cost?", "luganda": "Akuuma akayamba mu kuwulira ka ssente mmeka?" }, { "english": "He could not afford it but at least he got it for free.", "luganda": "Yabadde tasobola kukafuna naye wakiri yafunye ak'obwereere." }, { "english": "Older people lose their hearing senses as a result of age.", "luganda": "Abantu abakadde balekera awo okuwulira olw'emyaka gyabwe." }, { "english": "What are the characteristics of a person with hearing complications?", "luganda": "Biki ebiraga nti omuntu alina obuzibu mukuwulira?" }, { "english": "The receptionist welcomed us in a very respectable manner.", "luganda": "Omukozi ayaniriza abagenyi yatwanirizza mu ngeri eweesa ekitiibwa." }, { "english": "In Uganda teachers in public schools are periodically transferred to other schools.", "luganda": "Mu Uganda abasomesa mu masomero ga gavumenti bakyusibwa ne batwalibwa mu masomero amalala." }, { "english": "Workers are periodically assessed on their performance.", "luganda": "Buli luvannyuma lw'akabanga enkola y'abakozi yekalirizibwa." }, { "english": "Teachers are responsible for the pupils passing.", "luganda": "Abasomesa be bavunaanyizibwa ku kuyita kw'abaana." }, { "english": "What should teachers do to improve students general performance?", "luganda": "Abasomesa bateekeddwa kukola ki okulongoosa ensoma y'abayizi." }, { "english": "He called the journalists for a press conference tomorrow.", "luganda": "Yayise olukungaana lwa bannamawulire enkya." }, { "english": "Transfers are very inconveniencing.", "luganda": "Okukyusibwa kutataaganya." }, { "english": "Bosses need to keep a good relationship with their workers.", "luganda": "Abakozesa beetaaga okukuuma enkolagana ennungi n'abakozi baabwe." }, { "english": "Sick people should stay near to the health centre.", "luganda": "Abalwadde balina okusigala okumpi n'amalawaliro." }, { "english": "My sister worked for that organisation for over twenty years.", "luganda": "Muganda wange yakolera ekitongole ekyo okumala emyaka amakumi abiri." }, { "english": "Teachers report to schools to teach students.", "luganda": "Abasomesa bagenda ku masomero okusomesa abayizi." }, { "english": "Disciplinary measures are set to punish hostile people.", "luganda": "Amateeka agakuumisa empisa gatekebwawo okubonereza abantu ababi." }, { "english": "Over seventy teachers were transferred from Kampala district to other districts in Uganda.", "luganda": "Abasomesa abasoba mu nsanvu bakyusibwa okuva mu disitulikiti y'e Kampala ne batwalibwa mu disitulikiti endala" }, { "english": "The education officers shall be supervising schools anytime from now.", "luganda": "Abakungu b'ebyenjigiriza bajja kuba balambula amasomero obudde bwonna okuva kati." }, { "english": "What is the retirement age for civil servants in Uganda?", "luganda": "Myaka ki omukozi wa gavumenti kw'alina okunyukkira emirimu gye mu Uganda?" }, { "english": "When you reach your retirement age you shall have to handover office.", "luganda": "Bw'otuusa emyaka gy'okuwummula olina okuwaayo yafesi." }, { "english": "New workers are being recruited to fill up the vacant positions.", "luganda": "Abakozi abapya bawandiisibwa okujjuza ebifo ebikalu." }, { "english": "Pipes are put underground to help in the movement of water to the users.", "luganda": "Payipu ziteekebwa wansi w'ettaka okusobola okutambuza amazzi okutuuka ku bagakozesa." }, { "english": "Water supply is difficult in rocky and hilly areas.", "luganda": "Okutambuza amazzi kuzibu mu bifo by'enjazi n'obusozi." }, { "english": "When I was in the village I used to pump borehole water.", "luganda": "Bwe nali mu kyalo nasundanga amazzi ga nayikondo." }, { "english": "Some challenges require quick fixing.", "luganda": "Okusoomozebwa okumu kwetaaga kugonjolwa mu bwangu." }, { "english": "People in town centres face many challenges.", "luganda": "Abantu mu bibuga basisinkana okusoomozebwa kungi." }, { "english": "Hilly areas usually have a high altitude.", "luganda": "Ebifo eby'obusozi biba n'obuwanvu bwa waggulu okuva ku nyanja" }, { "english": "There are many alternative sources of water.", "luganda": "Waliwo ensibuko z'amazzi endala." }, { "english": "Droughts usually lead to water scarcity.", "luganda": "Ebyeya bireetera ebbula ly'amazzi ." }, { "english": "We have to accept to work with others willingly.", "luganda": "Tulina okukirizza okukola n'abalala nga tweyagalidde ." }, { "english": "Water at lower pressure flows slowly.", "luganda": "Amazzi agalina puleesa entono gakulukuta mpola." }, { "english": "Politicians usually make empty promises.", "luganda": "Bannabyabufuzi basuubiza nnyo ebisuubizo ebikalu." }, { "english": "Very few politicians are credible.", "luganda": "Bannabyabufuzi batono be bakiririzaamu." }, { "english": "Presidents solve national problems.", "luganda": "Abakulembeze b'eggwanga bagonjoola bizibu bya ggwanga." }, { "english": "Leaders can be replaced.", "luganda": "Abakulembeze basobola okukyusibwa." }, { "english": "Only ten journalists turned up for the press conference.", "luganda": "Bannamawulire kkumi bokka be bazze mu lukungana lwa bannamawulire." }, { "english": "Leaders are fond of wanting to cling into power for long.", "luganda": "Abakulembeze balina omuze gw'okweremeza mu buyinza okumala ebbanga eedene." }, { "english": "Politicians cannot be trusted.", "luganda": "Bannabyabufuzi tebasobola kwesigibwa" }, { "english": "Politicians make promises as a way of convincing voters.", "luganda": "Bannabyabufuzi bakola ebisuubizo basobole okumatiza abalonzi." }, { "english": "We have several political parties in Uganda.", "luganda": "Tulina ebibiina byobufuzi bingi mu Uganda." }, { "english": "Healing and reconciling give one peace of mind.", "luganda": "Okuwona n'okutabagana biwummuza obwongo." }, { "english": "I think it's time for Uganda to experience new political leadership.", "luganda": "Ndowooza ke kaseera Uganda okufuna obukulembeze bw'ebyobufuzi obupya." }, { "english": "Countries should learn from the experiences of fellow countries.", "luganda": "Ensi ziteekeddwa okuyigira ku bumanyirivu bw'ensi zinnaazo." }, { "english": "That political party is not known in the district.", "luganda": "Ekibiina ky'ebyobufuzi ekyo tekimanyiddwa mu disitulikiti ." }, { "english": "The party's liberation day is celebrated every twenty-sixth of January annually.", "luganda": "Olunaku lw'amenunula lujaguzibwa nga buli abiri mu mukaaga mu mwezi gwa Gattonya buli mwaka." }, { "english": "The party is determined to win the elections in most of the constituencies.", "luganda": "Ekibiina kimalirivu okuwangula akalulu mu bitundu ebisinga." }, { "english": "Our president was invited as the guest of honour for the ceremony.", "luganda": "Pulezidenti waffe yayanirizibwa nga omugenyi omukulu ku mukolo." }, { "english": "The ministry has donated twenty million shillings to the veterans.", "luganda": "Minisitule egabidde abaaziranako obukadde bwa siringi amakumi abiri." }, { "english": "People are actively participating in community activities.", "luganda": "Abantu beetabidde ddala mu mirimu gy'ekitundu." }, { "english": "Once you pledge you should endeavour to fulfil your pledge.", "luganda": "Buli lwe weyama oteekeddwa okutuukiriza obweyamo." }, { "english": "The party celebrated its thirty-fourth anniversary in existence.", "luganda": "Ekibiina kyajaguzza emyaka amakumi asatu mu ena bukya nga kibeerawo." }, { "english": "He was the member of parliament for that district.", "luganda": "Yali mubaka wa paalamenti w'eyo disiitulikiti ." }, { "english": "The member of parliament initiated the groups in that region.", "luganda": "Omubaka wa paalamenti yatandikawo ebibiina mu kitundu ekyo." }, { "english": "The president advised them to rename the group.", "luganda": "Omukulembeze w'eggwanga yabakubirizza okuddamu okutuuma ekibiina erinnya eddala." }, { "english": "There is an increase in the number of people joining the group every day.", "luganda": "Buli lunaku omuwendo gw'abantu abeyunga ku kibiina gulinnya.." }, { "english": "The village leaders asked the president to fulfil his pledge.", "luganda": "Abakulembeze b'okukyalo baasabye omukulembeze w'eggwanga okutukiriza obweyamo bwe." }, { "english": "The groups need money to operate effectively.", "luganda": "Ebibiina byetaaga ssente okuddukanyizibwa obulungi." }, { "english": "Different groups are created to help veterans.", "luganda": "Ebibiina eby'enjawulo bikolebwa okuyamba abazirwanako." }, { "english": "They asked the government to help in the setting up of industries in that area.", "luganda": "Baasabye gavumenti okubayamba okutegekawo amakolero mu kitundu ." }, { "english": "Money borrowed has helped women to improve their standards of living.", "luganda": "Ensimbi ezewolebwa zisobozesezza abakyala okutumbula embeera zaabwe ez'obulamu." }, { "english": "Loans are an important way to start or build a business.", "luganda": "Looni za mugaso mu kutandikwo oba okuzimba bizineesi ." }, { "english": "How does someone become a priest?", "luganda": "Omuntu afuuka atya kabona?" }, { "english": "There were rumours that he couldn't make it through the priesthood.", "luganda": "Waaliwo engambo nti yandiremererwa okutuuka ky'obusumba." }, { "english": "Catholics allow some married men to become ordained priests.", "luganda": "Abakatoliki bakirizza abasajja abamu abafumbo okufuuka ababuulizi." }, { "english": "Is there an age limit for becoming a priest?", "luganda": "Waliyo ekkomo ku myaka okufuuka kabona?" }, { "english": "Priests can not marry after ordination.", "luganda": "Abasumba tebasobola kuwasa oluvannyuma lw'okuttikirwa." }, { "english": "I was happy when my son became a deacon.", "luganda": "Nali musanyufu mutabani wange bwe yafuuka omu dinkoni." }, { "english": "People around the district attended his ceremony.", "luganda": "Abantu okwetolola eggombolola beetaba ku mukolo gwe." }, { "english": "His parents advised other youth to follow the deacons footsteps.", "luganda": "Bazadde be baakubiriza abavubuka okugoberera ebigere by'abadinkoni." }, { "english": "His son is well behaved and a God-fearing man.", "luganda": "Mutabani we wampisa era musajja atya katonda." }, { "english": "My mother is a devoted Christian.", "luganda": "Maama wange mukulisitaayo nnyo." }, { "english": "He is a God above all gods.", "luganda": "Ye Katonda ali waggulu wa ba katonda bonna." }, { "english": "The priesthood is a calling from God.", "luganda": "Obwa kabona kuyitibwa okuva eri Katonda." }, { "english": "It is God who chose me to serve him not the people.", "luganda": "Katonda ye ya nnonda okumuwereza so si bantu." }, { "english": "He was advised to remain faithful to God.", "luganda": "Yakubirizibwa okusigala nga mwesigwa eri Katonda." }, { "english": "During every election cycle many churches preach politics.", "luganda": "Mu buli kulonda ekanisa nnyingi zibuulirira ku byobufuzi." }, { "english": "He thanked his parents for allowing him to join the priesthood.", "luganda": "Yeebaza bazadde be okumukkiriza okweyunga ku bwa kabona." }, { "english": "People with diabetes can also take honey.", "luganda": "Abantu abalina obulwadde bwa ssukaali tebasobola kunywa mubisi gwa njuki." }, { "english": "It is a potential source of income to farmers.", "luganda": "Nsibuko ya bya nyingiza eri abalimi." }, { "english": "People never looked at beekeeping as a source of income.", "luganda": "Abantu tebaatwalanga kulunda njuki nga mulimu oguvaamu ssente." }, { "english": "Bees improve pollination of garden crops and flowers.", "luganda": "Enjuki zirongoosa entambuza y'empumbu mu nnimiro ne mu bimuli." }, { "english": "I have been raising queen bees for a long time.", "luganda": "Mbadde nunda enjuki okumala ekiseera ekiwanvu." }, { "english": "Honey plants produce nectar for bees.", "luganda": "Ebimera eby'omubissi biwa enjuki engaano." }, { "english": "Human should protect the natural environment.", "luganda": "Abantu balina okukuuma obutonde bw'ensi." }, { "english": "In Uganda the best honey is produced in Bushenyi.", "luganda": "Mu Uganda omubisi ogusinga obulungi gukolebwa mu Bushenyi." }, { "english": "Organizations help society to fight poverty through beekeeping.", "luganda": "Ebitongole biyambako ekitundu okulwanyisa obwavu okuyita mu kulunda enjuki." }, { "english": "Good quality honey will come from this region.", "luganda": "Omubisi gw'enjuki ogw'omutindo omulungi guva mu kino ekitundu." }, { "english": "They have boosted beekeeping in the community.", "luganda": "Batutumudde okulunda enjuki mu kitundu ." }, { "english": "More women are family breadwinners today.", "luganda": "Abakyala bangi basobola okubeezawo amaka ennaku zino ." }, { "english": "She was given five local beehives.", "luganda": "Yaweereddwa emizinga gy'enjuki ettaano ." }, { "english": "Women are highly participating in beekeeping.", "luganda": "Abakyala beenygidde nnyo mu kulunda enjuki." }, { "english": "Government has given aid to the victims of floods that occurred last month.", "luganda": "Gavumenti ewadde obuyambi abo abaakosebwa amataba agaaliwo omwezi oguwedde." }, { "english": "The district chairman has organised a leadership workshop at the headquarters.", "luganda": "Ssentebe wa disitulikiti ategese olukungaana lw'abakulembeze ku kitebe ekikulu." }, { "english": "Refugees face many challenges in the new places they settle.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu basisinkana okusomooza kungi mu bifo ebipya mwe babeera." }, { "english": "Our chairman is the newly appointed patron of the youths club in our village.", "luganda": "Ssentebe waffe ye mukulembeze omupya gwe balonze nga omuddukanya wa tiimu y'abavubuka ku kyalo kyaffe ." }, { "english": "The officer gave us good instructions at the beginning of the training.", "luganda": "Omukungu yatuwa ebiragiro ebirungi ku ntandikwa y'okutendekebwa." }, { "english": "A trained person is more productive at work than the unskilled.", "luganda": "Omuntu omutendeke akola bulungi ku mulimu okusinga oyo atalina bumanyirivu." }, { "english": "The women poultry project collapsed because of disunity among members.", "luganda": "Pulojekiti y'abakazi ey'okulunda enkoko yagwa olw'obutakwatagana mu bannakibiina." }, { "english": "Some financial institutions give loans with high-interest rates.", "luganda": "Ebitongole by'ensimbi ebimu biwola ssente ku magoba amangi." }, { "english": "The executive committee mismanaged the club's funds.", "luganda": "Akakiiko akakulu kaakwata bubi ensimbi za kiraabu." }, { "english": "Cutting down trees without replacement destroys the environment.", "luganda": "Okutema emiti awatali kuzzaawo kyonoona obutonde bw'ensi." }, { "english": "Our district received about three hundred refugees last year.", "luganda": "Disitulikiti yaffe yafuna abanoonyiboobubudamu abakunukiriza mu bisatu omwaka oguwedde." }, { "english": "Government has given financial support to all women groups in Uganda.", "luganda": "Gavumenti ewadde obuyambi bw'ensimbi eri ebibiina by'abakyala mu Uganda." }, { "english": "I wonder why the government workers salary has delayed this month.", "luganda": "Neewuunya lwaki omusaala gw'abakozi ba gavumenti guluddewo omwezi guno." }, { "english": "Most of the roads in rural areas are in a poor state.", "luganda": "Enguudo ezisinga mu byalo ziri mu mbera mbi ." }, { "english": "The district budget for this year will be read next week.", "luganda": "Embalirira ya disitulikiti ey'omwaka guno ejja kusomebwa wiiki ejja." }, { "english": "Government cautioned leaders to give full accountability for the money they received.", "luganda": "Gavumenti yalabudde abakulembeze okuwa embalirira yonna ku ssente ze baafunye." }, { "english": "Some times government work slows down because of delayed funds from ministries.", "luganda": "Olumu emirimu gya gavumemti gisooba kubanga ensimbi zirwayo mu Minisitule." }, { "english": "Our village council had allocated more money to improve health services.", "luganda": "Akakiiko k'ekyalo kyaffe kateeka ssente ezisingako mu mpereza y'ebyobulamu." }, { "english": "Taxes contribute to national development funds annually.", "luganda": "Emisolo giyamba ku nsimbi ezikulaakulanya eggwanga buli mwaka." }, { "english": "Government has increased salaries of medical workers effective next month.", "luganda": "Gavumenti eyongezza emisaala gy'abakozi b'ebyobulamu okutandika n'omwezi ogujja." }, { "english": "The road construction will begin this week.", "luganda": "Okuzimba oluguudo kujja kutandika mu wiiki eno." }, { "english": "The funds allocated are not enough to complete the maintenance of the road.", "luganda": "Ensimbi eziweereddwa tezimala kumaliriza kuddaabiriza luguudo." }, { "english": "Poor roads raise the risk of car accidents.", "luganda": "Enguudo embi zirinyisa obulabe bw'obubenje bw'emmotoka." }, { "english": "People who lose land in the process of expanding roads are always compensated.", "luganda": "Abantu abafiirwa ettaka mu nkola ey'okugaziya enguudo baliyirirwa." }, { "english": "The government puts in huge amounts of money in social services annually.", "luganda": "Gavumenti eteeka omuwendo gw'ensimbi munene mu mpereza y'abantu buli mwaka." }, { "english": "A larger part of the country lack clean water sources.", "luganda": "Ekitundu ky'eggwanga ekinene tekirina nsibuko y'amazzi mayonjo." }, { "english": "Government is happy with the new water sources funded by the government.", "luganda": "Gavumenti nsanyufu n'ensibuko y'amazzi empya ezivujjiriddwa gavumenti." }, { "english": "Drinking of dirty water causes many diseases to people in the community.", "luganda": "Okunywa amazzi amakyafu kireeta ebirwadde bingi eri abantu mu kitundu ." }, { "english": "It is safer to boil water before drinking it.", "luganda": "Kuba kwekuuma nnyo okufumba amazzi nga tonnaba ku ganywa." }, { "english": "Diarrhoea is very common in places with dirty water sources.", "luganda": "Ekiddukano kingi nnyo mu bifo ebirina amazzi amakyafu." }, { "english": "Organizations work jointly with the government in distributing clean water to all places.", "luganda": "Ebitongole bikolera wamu ne gavumneti mu kugabanya amazzi amayonjo mu bifo byonna." }, { "english": "Boreholes are the major sources of clean water in rural areas.", "luganda": "Nayikondo y'ensibuko enkulu ey'amazzi amayonjo mu byalo." }, { "english": "They assured the locals that they would construct more boreholes in the region.", "luganda": "Baakakasizza abatuuze nti bandizimba nnayikondo endala mu kitundu." }, { "english": "The cooperation has disconnected all people who fail to pay their water bills.", "luganda": "Ekitongole kiggyeko abantu bonna abalemeredwa okusasula ebisale by'amazzi." }, { "english": "All the boreholes in our region are in bad condition.", "luganda": "Nnayikondo zonna mukitundu kyaffe ziri mu mbeera mbi." }, { "english": "The wells in the villages should be cleaned and fenced.", "luganda": "Enzizi mu byalo zirina okugogolwa n'okussibwako olukomera." }, { "english": "Christians have raised money to support the expansion of their Church.", "luganda": "Abakrisitu basonze ssente okuyamba okugaziya ekkanisa yabwe." }, { "english": "Government has given new cars to all religious leaders in our districts.", "luganda": "Gavumenti ewadde abakulembeze b'amaddiini emmotoka empya mu disitulikiti yaffe ." }, { "english": "Churches carry out charity works to the needy in their community.", "luganda": "Ekkanisa ekola emirimu gya bulungibwansi eri abanaku mu kitundu." }, { "english": "Christians should continue donating to their Churches.", "luganda": "Abakrisitu bateekeddwa okwongera okugabira ekkanisa zaabwe." }, { "english": "Every Christian should contribute what he can afford to the construction of the church.", "luganda": "Buli mukrisitaayo ateekeddwa okuwaayo ky'asobola mu kuzimba ekkanisa." }, { "english": "Christianity promotes peace and mortality among people in a society.", "luganda": "Obukulisitaayo butumbula eddembe n'obuwangazi mu bantu mu kitundu." }, { "english": "Some followers blame their leaders for misusing church money.", "luganda": "Abagoberezi abamu banenya abakulembeze baabwe olw'okukozesa ensimbi obubi." }, { "english": "The money came in at a time when they needed to renovate the church floor.", "luganda": "Ssente zazze mu kaseera we babadde bazeetaagira okuddabiriza wansi mu kkanisa." }, { "english": "The leaders thanked Christians for their commitment to developing God's work.", "luganda": "Abakulembeze beebaza abakulisitaayo olw'okwewaayo mu kukulaakulanya omulimu gwa mukama." }, { "english": "Christians outside Uganda have donated fifty bags of cement.", "luganda": "Abakristu wabweru wa Uganda batonye ensawo za seminti amakumi ataano." }, { "english": "The church has been in existence for forty-five years.", "luganda": "Ekkanisa ebaddewo okumala emyaka amakumi ana mu etaano." }, { "english": "The president yesterday passed out eighty assistant inspectors of police.", "luganda": "Pulezidenti eggulo yayisizza abamyuka abaddukanya poliisi kinaana ." }, { "english": "The officers were trained on how to react in any situation.", "luganda": "Abakungu baatendekeddwa ku ngeri y'okweyisaamu mu buli mbeera ." }, { "english": "The training will help police officers get more communication skills.", "luganda": "Okutendekebwa kujja kuyamba abakungu bapoliisi okufuna obukugu mu kuwuliziganya." }, { "english": "More training was given to them about the tear gas grenade use.", "luganda": "Okutendekebwa okusingawo kwa bawebwa nga kukwata ku nkozesa y'omukka ogubalagala ne guluneedi." }, { "english": "They were trained new skills of anti-riot control.", "luganda": "Baatendekebwa obukodyo obupya obw'okulwanyisa obwegugungo" }, { "english": "Such training began way back in the late sixties.", "luganda": "Entendeka eyo yatandika ddako mu myaka gy'enkaga." }, { "english": "We need to promote peace in Northern Uganda.", "luganda": "Twetaaga okutumbula eddembe mu bukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "The police commander was transferred to another police station.", "luganda": "Omuduumizi wa poliisi yakyusibwa n'atwalibwa ku sitenseni ya poliisi endala." }, { "english": "Police fires tear gas at the protestors.", "luganda": "Poliisi ekuba omukka ogubalagala eri abeekalakaasi." }, { "english": "The police beat the suspects.", "luganda": "Poliisi ekuba abateeberezebwa okuzza emisango." }, { "english": "I have high blood pressure.", "luganda": "Nina puleesa eya waggulu." }, { "english": "How many people participated in the previous election?", "luganda": "Bantu bameka abeetaba mu kalulu akaasembayo?" }, { "english": "How many people have registered for the training?", "luganda": "Bantu bameka abewandiisizza okutendekebwa?" }, { "english": "We should embrace our differences.", "luganda": "Tuteekeddwa okwaniriza enjawukana zaffe?" }, { "english": "Criminals take advantage of demonstration to steal people's property.", "luganda": "Abakozi b'ebikolobero beyambisa okwekalakaasa okubba ebintu by'abantu." }, { "english": "We are fighting for our freedom.", "luganda": "Tulwanirira ddembe lyaffe." }, { "english": "How much money have you invested in that football club?", "luganda": "Ssente mmeka z'osize mu ttiimu y'omupiira gw'ebigere ?" }, { "english": "How can we protect sensitive information from the public?", "luganda": "Tuyinza tutya okutangira obubaka obwekusifu okutuuka mu bantu." }, { "english": "That is your own imagination.", "luganda": "Okwo kuteebereza kwo" }, { "english": "Have you played any league game?", "luganda": "Wali weetabyeko ku mizannyo gy'empaka gyonna.?" }, { "english": "We have basketball games tonight.", "luganda": "Tuyina emizanyo gy'omupiira gw'ensero ekiro." }, { "english": "What time is the practice?", "luganda": "Okwegezaamu kwa saawa mekka.?" }, { "english": "What are the duties of the referee?", "luganda": "Mugaso ki ogwa leefu?" }, { "english": "What football club do you support?", "luganda": "Owagira ttiimu ya mupiira ki?" }, { "english": "What is the salary structure in this company?", "luganda": "Obusengeke bw'omusala gwa kampuni eno buli butya?" }, { "english": "Why do referees manipulate games?", "luganda": "Lwaki baddiifiri bafutyanka emizannyo ?" }, { "english": "How many penalties were in that football match?", "luganda": "Mu muzannyo gw'omupiira ogwo mwalimu penati mmeka?" }, { "english": "What causes corruptions among the leaders?", "luganda": "Kiki ekireeta obuli bw'enguzi mu bakulembeze?" }, { "english": "Football is an interesting game.", "luganda": "Omupiira gw'ebigere muzannyo ogunyuma." }, { "english": "In what region do floods occur?", "luganda": "Amataba gabeera mu bitundu ki?" }, { "english": "How many players make a football team?", "luganda": "Bazannyi bameka abakola ttiimu y'omupiira gw'ebigere?" }, { "english": "Who are the craziest football fans?", "luganda": "Bawagizi ki ab'omupiira gw'ebigere abasinga obulalu?" }, { "english": "What is the punishment for match-fixing?", "luganda": "Kibonerezo ki eky'okugulirira oluzannya." }, { "english": "Under what circumstances could unclassified information be considered a threat to the nation.", "luganda": "Mbeeraki obubaka obutali bwekusifu gye butwalibwa ng'obwobulabe eri eggwanga." }, { "english": "The road is so narrow.", "luganda": "Oluguudo lufunda nnyo." }, { "english": "What are the benefits of public transport?", "luganda": "Migaso ki egiri mu ntambula z'olukale?" }, { "english": "How much money does a primary school teacher earn?", "luganda": "Omusomesa w'eddala lya pulayimale afuna ssente mmeka?" }, { "english": "What is the name of that construction company?", "luganda": "Ekyo ekitongole ekizimba kiyitibwa linnya ki?" }, { "english": "I need access to clean water.", "luganda": "Neetaaga okufuna amazzi agatukula." }, { "english": "Which year were you born?", "luganda": "Wazaalibwa mwaka ki?" }, { "english": "A woman is pregnant for nine months.", "luganda": "Omukyala ali lubuto lwa myezi mwenda." }, { "english": "When is the first phase of the project beginning?", "luganda": "Omutendera gwa pulojekiti ogusooka gutandika ddi?" }, { "english": "I have my birthday next week.", "luganda": "Nina amazalibwa gange wiiki ejja." }, { "english": "What is the importance of agriculture?", "luganda": "Okulima n'okulunda kulina mugaso ki?" }, { "english": "Who is responsible for the implementation of public policy?", "luganda": "Ani avunaanyizibwa okussa amateeka agafuga abantu?" }, { "english": "Political parties are launching their manifesto next week.", "luganda": "Ebibiina byobufuzi bitongoza manifesito zaabyo wiiki ejja." }, { "english": "Mobile phones are used in communicating.", "luganda": "Amasimu g'omu ngalo gakozesebwa mu kuwuliziganya." }, { "english": "Television is a source of entertainment.", "luganda": "Terefayina nsibuko ya bisanyusa." }, { "english": "My mother is cooking food.", "luganda": "Maama wange afumba mmere." }, { "english": "Our project needs more funding.", "luganda": "Pulojeketi yaffe yetaaga ensimbi endala." }, { "english": "What is the reason for suing your father in court?", "luganda": "Nsonga ki ekuwaabizza taata wo mu kkooti?" }, { "english": "What are problems faced by the people of West Nile?", "luganda": "Abantu b'obugwanjuba bwa Nile basisinkana bizibu ki ?" }, { "english": "Statistics show that many women die while giving birth.", "luganda": "Okunoonyereza kulaga nti abakyala abasinga bafa nga bazaala." }, { "english": "How do you describe a person with a disability?", "luganda": "Onnyonnyola otya omuntu aliko obulemu?" }, { "english": "We are working towards having a better tomorrow.", "luganda": "Tukolerera kufuna ebiseera ebijja ebirungi." }, { "english": "You deserve better than this.", "luganda": "Osaana ekisinga ku kino." }, { "english": "Who are the most vulnerable people?", "luganda": "Bantu ki abasinga obwetaavu?" }, { "english": "How do you write an objective?", "luganda": "Owandiika otya ebigendererwa byo?" }, { "english": "How do you express your feelings?", "luganda": "Oyolesa otya engeri gy'owuliramu?" }, { "english": "When did you lose your sight?", "luganda": "Ddi lwe walekera awo okulaba?" }, { "english": "He made a conceptual error such as multiply two fractions.", "luganda": "Yakoze ensobi mu kulowooza nga okukubisamu okukubisa ebitundutundu ebibiri." }, { "english": "Let us meet in the trading centre.", "luganda": "Tusisinkane mu kifo ky'ebyobusuubuzi ." }, { "english": "Where is the trading centre located?", "luganda": "Ekifo ky'ebyobusuubuzi kisangibwa wa?" }, { "english": "Who is washing your car?", "luganda": "Ani ayoza emmotoka yo?" }, { "english": "What skills do you have?", "luganda": "Olina bukugu ki?" }, { "english": "Is that a wholesale shop?", "luganda": "Eryo ly'edduuka erisuubuza?" }, { "english": "I am having a busy day.", "luganda": "Nina eby'okukola bingi olwaleero." }, { "english": "We need to hire a professional for this job.", "luganda": "Twetaaga okupangisa omukugu okukola omulimu guno." }, { "english": "What is the name of that town?", "luganda": "Ekibuga ekyo kiyitibwa linnya ki?" }, { "english": "He helped me get a job.", "luganda": "Yannyamba okufuna omulimu." }, { "english": "Where will the tailoring training be?", "luganda": "Okutendekebwa kw'ekyalani kunaabeerawa?" }, { "english": "Will you enrol for that course?", "luganda": "Onewandiisa ku lusoma olwo?" }, { "english": "When are you finishing your exams?", "luganda": "Omaliriza ddi ebibuuzo byo?" }, { "english": "How many students drop out due to lack of school fees?", "luganda": "Abayizi bameka abaava mu ssomero olw'okubulwa ebisale by'essomero.?" }, { "english": "How long is the training period?", "luganda": "Okutendekebwa kutwala bbanga ki?" }, { "english": "What is the purpose of starting a school?", "luganda": "Okutandikawo essomero kulimu mugaso ki?" }, { "english": "You should learn something new.", "luganda": "Oteekeddwa okuyigawo ekintu ekipya." }, { "english": "My village is a place that I like to visit in my holidays.", "luganda": "Ekyalo kyange kye kifo kyenjagala okukyalira mu luwummula." }, { "english": "How do you know if someone is an expert?", "luganda": "Otegeera otya nti omuntu mukugu?" }, { "english": "What is the capital city of Uganda?", "luganda": "Ekibuga kya Uganda ekikulu bakiyita batya?" }, { "english": "How long should you wait before marrying?", "luganda": "Olina kulinda bbanga ki nga tonnawasa?" }, { "english": "What do you do on the festive season?", "luganda": "Biki by'okola mu biseera by'ebikujjuko?" }, { "english": "You should join one of the vocational institutions.", "luganda": "Oteekeddwa okweyunga ku gamu ku masomero g'ebyemikono." }, { "english": "What are some of the challenges you face while raising funds?", "luganda": "Mufuna kusomooza ki nga musonda ensimbi?" }, { "english": "What are some of the vocational skills?", "luganda": "Obumu ku bukugu bw'ebyemikono bwe buliwa?" }, { "english": "How do you train students?", "luganda": "Otendeka otya abayizi?" }, { "english": "How many students sat for their examinations?", "luganda": "Bayizi bameka abatuula ebibuuzo byabwe?" }, { "english": "How many students have been enrolled for an entrepreneurship course?", "luganda": "Bayizi bameka abawereddwa essomo ly'ebyensuubula?" }, { "english": "Who is setting the primary two exams?", "luganda": "Ani agenda okuwandiika ebibuuzo bya pulayimale ey'okubiri." }, { "english": "We are planning to give back to the community during the Christmas season.", "luganda": "Tuli mu kuteekateeka okuddiza ku b'ekitundu mu kiseera kya ssekukulu ." }, { "english": "Do you have an examination centre?", "luganda": "Mulina essomero werituulira ebibuuzo?" }, { "english": "Does getting pregnant cause girls to drop out of school?.", "luganda": "Okufuna embuto kuleetera abawala okuva mu somero?" }, { "english": "Where do you plan to buy land?", "luganda": "Wa gy'oteekateeka okugula ettaka?" }, { "english": "Is short term health insurance a good idea?", "luganda": "Yinsuwa y'akaseera akatono kirowoozo kirungi?" }, { "english": "What are the ten best primary schools in Kampala?", "luganda": "Amasomero ekkumi agasinga mu Kampala ge galiwa?" }, { "english": "How do I get my bank statement printed?", "luganda": "Nsobola ntya okufuna sitatimenti yange eya bbanka ng'efulumiziddwa." }, { "english": "How do you show accountability?", "luganda": "Olaga otya embalirira?" }, { "english": "How do we spell the word purchase?", "luganda": "Ennukuta ki eziri mu kigambo Purchase?" }, { "english": "What is a requisition form?", "luganda": "Foomu esaba yeriwa ?" }, { "english": "We have an emergency meeting today.", "luganda": "Tuyina olukiiko olw'amangu leero." }, { "english": "How do I open up a bank account?", "luganda": "Nzigulawo ntya akawunti mu bbanka?" }, { "english": "How much money did you withdraw?", "luganda": "Wagyeyo ssente mmeka?" }, { "english": "How do we address a formal letter to the Headteacher?", "luganda": "Tuwandiika tutya ebbaluwa entongole eri omukulu w'essomero?" }, { "english": "Members should be accountable for allocated funds.", "luganda": "Ba mmemba b'ekibiina bavunaanyizibwa ku ssente eziba zibaweereddwa." }, { "english": "Process responsibility was handed over to the advocacy committee.", "luganda": "Obuvunaanyizibwa bw'enteekateeka bwaweebwayo eri akakiiko akawagira ensonga." }, { "english": "Parents need to receive school fees accountability.", "luganda": "Abazadde balina okufuna embalirira y'ebisale by'essomero." }, { "english": "The church will take care of the orphans' school fees.", "luganda": "Ekkanisa ejja kukwasaganya ebisale by'essomero ebya bamulekwa." }, { "english": "Norms and morals of young people should be preserved.", "luganda": "Ennono n'obuwangwa by'abavubuka biteekeddwa okukumibwa." }, { "english": "Sex education should be taught in schools.", "luganda": "Amasomo ag'ekuusa ku kwegatta gateekeddwa okusomesebwa mu masomero." }, { "english": "School children are more curious after sex education.", "luganda": "Abaana b'essomero babeera bayayana okumanya oluvanyuma lwokuyigirizibwa ku ssomo ery'ekuusa ku kwegatta." }, { "english": "Paternal aunties play an important role in sex education.", "luganda": "Ba ssengabakola omulimu omukulu mu kusomesa ku by'okwegatta." }, { "english": "Clan leaders should teach sex education in schools.", "luganda": "Abakulembeze b'ebika bateekeddwa okusomesa omusomo ogwekuusa ku kikula n'ebikolwa by'omukwano mu masomero." }, { "english": "It is a taboo to mention private parts in some cultures.", "luganda": "Kizira okwogera ku bitundu eby'ekyama mu buwangwa obumu." }, { "english": "The speech was given between partnership meetings.", "luganda": "Okwogera kwakolebwa wakati w'enkiiko z'omukago." }, { "english": "Family planning should be taught in schools.", "luganda": "Enkola ya kizaala ggumba eteekeddwa okusomesebwa mu masomero" }, { "english": "The spread of AIDS in married couples is due to unfaithfulness.", "luganda": "Okusaasaana kw'akaawuka ka mukenenya mu bafumbo kiva ku butaba beesigwa." }, { "english": "Stakeholders should be consulted before plan implementation.", "luganda": "Abakwatibwako ensonga bateekeddwa okwebuuzibwako nga enteekateeka tennasibwa mu nkola." }, { "english": "Religious leaders should preach faithfulness in marriages.", "luganda": "Abakulembeze b'eddiini bateekeddwa okubulirira obwesigwa mu bufumbo." }, { "english": "Biology teachers also teach sex education in schools.", "luganda": "Abasomesa b'essomo lya Biology basomesa ku nsonga ez'okwegatta mu masomero ." }, { "english": "Cultural leaders should play a part in sex education.", "luganda": "Abakulembeze b'ebyobuwangwa bateekeddwa okubaako kye bakola mu kusomesa ku kwegatta." }, { "english": "West Nile used to have prominent leaders.", "luganda": "Ekitundu ky'obugwanjuba bwa Nile kyabeeranga n'abakulembeze abatutumufu." }, { "english": "The constitution was amended.", "luganda": "Ssemateeka ya longoosebwa." }, { "english": "Cultural institutions were re-installed.", "luganda": "Amatendekero g'ebyobuwangwa gaddiziddwawo." }, { "english": "Roads have been handed over for construction.", "luganda": "Enguudo ziweereddwayo okuzimbibwa." }, { "english": "The roads were handed over to a foreign company for construction.", "luganda": "Enguudo zaweereddwayo eri ekitongole ky'ebweru okuzizimba." }, { "english": "Funds were received to start construction.", "luganda": "Ssente zaafunibwa okutandika okuzimba ." }, { "english": "The road was handed over to a construction contractor.", "luganda": "Oluguudo lwaweereddwa kontulakita w'okuzimba." }, { "english": "The roads will be constructed with street lights.", "luganda": "Enguudo zijja kuzimbibwa nga ziriko ebitaala." }, { "english": "Northern Uganda has benefited from the construction program.", "luganda": "Obukiikakkono bwa Uganda buganyuddwa okuva mu pulogulamu y'okuzimba." }, { "english": "The municipality received money for infrastructure development.", "luganda": "Munisipaali yafuna ssente ez'okukulaakulanya emizimbo." }, { "english": "They used funds for road construction.", "luganda": "Ensimbi baazikozesa kuzimba luguudo." }, { "english": "They are building a modern taxi park.", "luganda": "Bali mu kuzimba paaka ya takisi ey'omutindo." }, { "english": "They need to work together to finish the projects.", "luganda": "Beetaaga okukolera awamu okumaliriza pulojekiti." }, { "english": "The road project belongs to the people and not the government.", "luganda": "Pulojekiti y'okuzimba ekkubo y'abantu so si gavumenti." }, { "english": "The roads will be public.", "luganda": "Enguudo zijja kuba za lukale." }, { "english": "The public is advised to embrace the project.", "luganda": "Abantu bakubiriziddwa okwaniriza pulojekiti." }, { "english": "The public is advised to work hand in hand with contractors.", "luganda": "Abantu bakubiriziddwa okukolera awamu ne ba kontulakita." }, { "english": "The construction is meant for city development.", "luganda": "Okuzimba kugendereddwa kukulaakulanya kibuga." }, { "english": "They will start construction by clearing trees.", "luganda": "Bajja kutandika okuzimba nga bagyawo emiti." }, { "english": "The money will be used for road projects.", "luganda": "Ssente zijja kukozesebwa mu pulojekiti z'enguudo." }, { "english": "The headmaster handed in his resignation letter.", "luganda": "Omukulu w'essomero yawaddeyo ebbaluwa erekulira omulimu." }, { "english": "They disagreed on school funds.", "luganda": "Tebakkaanyiza ku nsimbi z'essomero." }, { "english": "The team illegally received funds.", "luganda": "Ttimu yafuna ssente mu bumenyi bw'amateeka." }, { "english": "They were requested to pay a fine.", "luganda": "Baabasabye basasule omutango." }, { "english": "The name of the project was used illegally.", "luganda": "Erinnya lya pulojekiti lya kozesebwa mu bumenyi bw'amateeka." }, { "english": "The money will be transferred to the school account.", "luganda": "Ssente zijja kuddizibwa ku akawunti y'essomero." }, { "english": "The team refused to agree on which account to transfer money.", "luganda": "Tiimu yalemereddwa okukkaanya ku akawunti ey'okusaako ssente." }, { "english": "There was pressure to start roads construction.", "luganda": "Wabadewo obunkenke mu kutandika okuzimba enguudo." }, { "english": "They were not eligible to start an account.", "luganda": "Baali tebasaaanidde kuggulawo akawunti" }, { "english": "The teachers blamed the students for spreading wrong rumours.", "luganda": "Abasomesa baanenyezza abayizi olw'okusaasaanya engambo enkyamu." }, { "english": "The headteacher mismanaged the funds given to them.", "luganda": "Omukulembeze w'essomero yakozesa bubi ensimbi ezaamuweebwa." }, { "english": "The parent requested the headteacher to change their minds.", "luganda": "Abazadde baasaba omukulu w'essomero okukyusa endowooza ye." }, { "english": "Headteachers should hire more staff for better management.", "luganda": "Abakulu b'essomero bateekeddwa okwongera ku bakozi okusobola okuddukanya obulungi." }, { "english": "The ambulances were impounded over tax payment.", "luganda": "Emmotoka ezitambuza abalwadde zaakwatibwa olw'obutasasulibwa musolo." }, { "english": "The ambulances were purchased for expectant pregnant mothers.", "luganda": "Emmotoka ezitambuza abalwadde zaagulibwa olw'abakyala ab'embuto." }, { "english": "The ambulance owners are required to pay tax before using them.", "luganda": "Bannannyini mmotoka ezitambuza abalwadde betaagisibwa okusasula omusolo nga tebannazikozesa." }, { "english": "The revenue authority requires a fifty per cent tax from the amount used during purchase.", "luganda": "Ekitongole kya Revenue Authority kyetaaga ebitundu amakumi ataano ku buli kikumi okuva ku muwendo ogwakozesebwa mu kugula." }, { "english": "He was told that ambulance purchases are tax-free.", "luganda": "Yategezeddwa nti okugula emmotoka ezitambuza abalwadde tekugibwako musolo." }, { "english": "They are working on having the ambulances released.", "luganda": "Bali mu kukola ku ky'okuta emmotoka ezitambuza abalwadde." }, { "english": "He promised to clear all his taxes.", "luganda": "Yasuubiza okusasula emisolo gyonna egimubanjibwa." }, { "english": "The ambulances will be taken to rural areas.", "luganda": "Emmotoka ezitambuza abalwadde zijja kutwalibwa mu byalo." }, { "english": "People have died due to lack of ambulances in rural areas.", "luganda": "Abantu bafudde olw'obutaba na mmotoka zitambuza balwadde mu byalo." }, { "english": "She saved her salary to buy ambulances.", "luganda": "Yatereka omusaala gwe okugula emmotoka etambuza abalwadde." }, { "english": "The ambulances will be released before the next year.", "luganda": "Emmotoka ezitambuza abalwadde zijja kuteebwa ng'omwaka ogujja tegunnatuuka." }, { "english": "They confirmed that the ambulances are tax-free.", "luganda": "Baakakasiza nti emmotoka ezitambuza abalwadde tezigibwako musolo." }, { "english": "They are withholding important details on taxation issues.", "luganda": "Beesigalizza ensonga enkulu ku bikwatagana ku musolo." }, { "english": "There is a high mortality rate in the region.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu abafa mu kitundu guli waggulu." }, { "english": "People are encouraged to participate in elections.", "luganda": "Abantu bakubiriziddwa okwetaba mu kalulu." }, { "english": "The government should get involved in country dialogue processes.", "luganda": "Gavumenti eteekeddwa okwenyigira mu nkola y'okwogeraaganya mu ggwanga." }, { "english": "They need to agree on national consensus to promote peace.", "luganda": "Beetaaga okutuuka ku nzikiriziganya ey'awamu okutumbula emirembe." }, { "english": "Women are advised to participate in electoral processes.", "luganda": "Abakyala bakubirizibwa okwetaba mu by'okulonda." }, { "english": "They didn't get accountability for the dialogue.", "luganda": "Tebafunye mbalirira y'ebyava mu kwogeraganya." }, { "english": "The government should offer leadership in different processes.", "luganda": "Gavumenti eteekeddwa okugaba obukulembeze mu nteekateeka ez'enjawulo." }, { "english": "The government will mobilise funds.", "luganda": "Gavumenti ejja kukungaanya ensmbi?" }, { "english": "They gave a speech at the press conference.", "luganda": "Bayogera ku lukungaana lwa bannamawulire ." }, { "english": "There were mixed legislative actions and blame games.", "luganda": "Waliwo okutabika ebikolwa by'amateeka n'emizannyo gy'okunenyezebwa." }, { "english": "The general elections are one year away.", "luganda": "Okulonda kw'abonna kubuzaayo omwaka gumu." }, { "english": "Court advised that the electoral process is revised.", "luganda": "Kkooti yawabudde nti enkola y'okulonda yekenneenyezebwe." }, { "english": "Citizens are advised to participate in the election processes.", "luganda": "Abatuuze bakubiriziddwa okwetaba mu kalulu." }, { "english": "Leadership determines the status of every society.", "luganda": "Obukulembeze bwe busalawo embeera ya buli kitundu ." }, { "english": "People should use elections to replace bad leaders with good ones.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okukozesa okulonda okusigiza abakulembeze ababi n'abalungi." }, { "english": "Leaders are accountable to the electoral commission.", "luganda": "Akakiiko k'ebyokulonda kavunaanyizibwa ku bakulembeze." }, { "english": "All leaders are equally important.", "luganda": "Abakulembeze bonna ba mugaso kyenkanyi." }, { "english": "The officials were granted bail.", "luganda": "Abakungu baweebwa akakalu ka poliisi." }, { "english": "They discovered that the banker was Ugandan.", "luganda": "Baakizuula nti omukozi wa bbanka yali munnayuganda." }, { "english": "The bankers were abducted the previous week.", "luganda": "Abakozi b'omu bbanka bawambibwa wiiki ewedde" }, { "english": "The bank officials required security for the loan.", "luganda": "Abakungu ba bbanka beetaaga omusingo ogwa looni." }, { "english": "The officials were handcuffed and arrested.", "luganda": "Abakungu baateereddwa ku mpingu era ne basibibwa." }, { "english": "The case was dropped as soon as they agreed to take action.", "luganda": "Omusango gwasaziddwamu amangu ddala nga bakiriziganyizza okukola." }, { "english": "The bankers can't be charged with illegal entry into the country.", "luganda": "Abakozi b'omu bbanka tebasobola kuvunaanwa gwa kuyingira ggwanga mu bumenyi bw'amateeka." }, { "english": "The property has been transferred to the banker's name.", "luganda": "Ebintu bidiziddwa mu mannya g'omukozi wa bbanka." }, { "english": "The documents were handed in as requested.", "luganda": "Empapula zaweeredwayo nga bwe kyasabiddwa." }, { "english": "The foreigner will be arrested for his illegal actions.", "luganda": "Omugwira ajja kusibwa olw'ebikolwa bye ebimenya amateeka." }, { "english": "They received two announcements on the radio.", "luganda": "Bafunye ebirango bibiri ku laadiyo." }, { "english": "The scheduled meeting was illegal.", "luganda": "Olukukiiko olwategekeddwa lwa badde lumenya mateeka." }, { "english": "Parents were briefed about anomalies in school management.", "luganda": "Abazadde baabuulirwa ku nkyukakyuka mu baddukanya essomero." }, { "english": "The failed meeting resulted in a police case.", "luganda": "Olukiiko olwalemye lwafuuse musango gwa poliisi." }, { "english": "The school management committee requested for the meeting.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya essomero kaasabye wabeerewo olukiiko." }, { "english": "The officials were replaced for failure to follow protocol.", "luganda": "Abakungu baakyusiddwa olw'okulemererwa okugoberera emitendera." }, { "english": "Officials have abused school funds.", "luganda": "Abakungu balinyiridde ebyenfuna by'essomero." }, { "english": "They blocked committee duties because of monetary issues.", "luganda": "Baalemesa emirimu gy'akakiiko olw'ensonga za ssente." }, { "english": "The money that was withdrawn remains unaccounted for.", "luganda": "Ssente ezagibwayo zasigala tezirina mbalirira." }, { "english": "A general meeting has been scheduled to deal with regional issues.", "luganda": "Olukiiko lwawamu lwategekeddwa okukwasaganya ensonga z'ekitundu." }, { "english": "Many parents were complaining about the fees increment.", "luganda": "Abazadde abasinga b'abadde bemulugunya ku ky'okulinyisa ebisale by'essomero." }, { "english": "The school was founded by a bishop.", "luganda": "Essomero lyatandikibwawo Omulabirizi." }, { "english": "People were arrested today.", "luganda": "Leero abatu baasibiddwa." }, { "english": "Five prisoners were released yesterday.", "luganda": "Abasibe bataano baateeredwa egulo" }, { "english": "Many people got bank loans during the lockdown.", "luganda": "Abantu bangi bewola ssente mu bbanka mu biseera by'omuggalo." }, { "english": "Land can work as collateral security.", "luganda": "Ettaka lisobola okukola nga omusingo." }, { "english": "More people were arrested today.", "luganda": "Abantu abalala baasibidwa leero." }, { "english": "The issue has been reported to the village police.", "luganda": "Ensonga eroopeddwa ku poliisi y'ekyalo." }, { "english": "The police refused to listen to the prisoners.", "luganda": "Poliisi egaanye okuwuliriza abasibe." }, { "english": "The land was bought by a certain old man.", "luganda": "Etakka lyagulibwa omusajja omukadde." }, { "english": "There was a court session on land-related cases today.", "luganda": "Wabaddewo olutuula lwa kkooti ku nsonga z'ettaka olwaleero." }, { "english": "The land conflict has not been resolved yet.", "luganda": "Enkaayana ku ttaka tezinnagonjoolwa." }, { "english": "Uganda has some Congolese soldiers.", "luganda": "Uganda erina abamu ku bajaasi aba Congo." }, { "english": "Banks need to be transparent.", "luganda": "Bbanka zetaaga okuba enjerufu." }, { "english": "Everyone should acquire a national identity card.", "luganda": "Buli omu ateekeddwa okufuna endagamuntu." }, { "english": "The arrested officials were released yesterday.", "luganda": "Abakungu abaasibiddwa egulo bateereddwa." }, { "english": "Many girls carry out an abortion secretly.", "luganda": "Abawala abasinga bagyamu embuto mu kyama." }, { "english": "Murder is such a sin.", "luganda": "Obutemu kibi nnyo." }, { "english": "People should desist from abortions.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okwewala okugyamu embuto ." }, { "english": "Ladies should be sensitized about the dangers of aborting.", "luganda": "Abakyala bateekeddwa okusomesebwa ku kabi akali mu kuggyamu embuto." }, { "english": "Parents should take care of their children.", "luganda": "Abazadde bateekeddwa okulabirira abaana baabwe." }, { "english": "It is the parents' duty to groom their children.", "luganda": "Mulimu gwa muzadde okukuza omwana obulungi" }, { "english": "Uganda is endowed with vast resources.", "luganda": "Uganda yaweebwa eby'obugagga eby'enjawulo." }, { "english": "People are not maximizing the resources present.", "luganda": "Abantu tebakozesezza bulungi bya bugagga ebiriwo." }, { "english": "We should always be grateful to God.", "luganda": "Tuteekeddwa okusiimanga Katonda." }, { "english": "The church has done a lot to instil positivity among the masses.", "luganda": "Ekkanisa ekoze omulimu munene okuteeka endowooza ennungi mu bantu ." }, { "english": "People should seek to know God more.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okwongera okunoonya Katonda." }, { "english": "Everyone should work hard.", "luganda": "Buli omu ateekeddwa okukola ennyo ." }, { "english": "We should help each other overcome challenges.", "luganda": "Tuteekeddwa okuyambagana okuwangula ebitusomooza ." }, { "english": "Everyone is responsible for stopping corruption.", "luganda": "Buli omu avunaanyizibwa okulwanyisa enguzi." }, { "english": "Girls still need to be empowered.", "luganda": "Abawala bakyetaaga okutumbulwa." }, { "english": "People should be kind to each other.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okuba ab'ekisa eri bannaabwe." }, { "english": "He requested everyone to renew their lives this year.", "luganda": "Yasabye buli omu okuzza obuggya obulamu bwe omwaka guno." }, { "english": "More people go to bars lately.", "luganda": "Ennaku zino abantu beyongedde okugennda mu mabbaala ." }, { "english": "Festive seasons are always moments for families to meet up.", "luganda": "Ebiseera by'ebikujjuko bibeera biseera bya nganda ku sisinkana." }, { "english": "Certain songs are played for specific occasions.", "luganda": "Enyimba ezimu zikubibwa ku mikolo mirondemu." }, { "english": "The organizers disclosed the budget for the event.", "luganda": "Abategesi baayanjudde embalirira y'omukolo." }, { "english": "Teen events usually cause a lot of traffic jam.", "luganda": "Ebikujjuko by'abattiini bulijjo bireeta akalipagano k'ebidduka." }, { "english": "Youths turned up in big numbers for the event.", "luganda": "Abavubuka bazze mu bungi ku mukolo." }, { "english": "Several artists turned up for the event as well.", "luganda": "Bannabitone bangi nabo bazze ku mukolo." }, { "english": "Decoration should be highly budgeted for.", "luganda": "Okutimba kuteekeddwa okubaliririrwa waggulu." }, { "english": "We received more people at the party than we had anticipated.", "luganda": "Twafunye abantu bangi okusukka ku be twategekedde." }, { "english": "The party was really colourful.", "luganda": "Omukolo gwabadde musuffu." }, { "english": "It was such an enjoyable event.", "luganda": "Gwabadde mukolo gwa ssanyu." }, { "english": "There was tight security at the party.", "luganda": "Ebyokwerinda ku mukolo by'abadde bya waggulu." }, { "english": "All attendees of the party parked their cars in one place.", "luganda": "Bonna abazze ku mukolo emmotoka zaabwe baazitadde mu kifo kimu." }, { "english": "They deployed enough security personnel at the venue.", "luganda": "Baayiye ab'ebyokwerinda abamala mu kifo." }, { "english": "There was a lot of traffic jam due to the party.", "luganda": "Wabaddewo akalipaggano k'ebidduka olw'omukolo." }, { "english": "Many hotels in Arua hosted parties on the same day.", "luganda": "Amawooteeri mangi mu Arua gaategese emikolo ku lunaku lwe lumu." }, { "english": "The Bishop requested the congregation to support various outreaches.", "luganda": "Omulabirizi yasabye abakungaanye okuyamba ku buweereza obw'enjawulo." }, { "english": "Priests empower our community.", "luganda": "Abasumba batumbula ebitundu byaffe." }, { "english": "The Bishop was grateful to the event organisers.", "luganda": "Omwepiskoopi yasimye abategesi b'omukolo." }, { "english": "The community needs to support religious leaders.", "luganda": "Ab'ekitundu beetaaga okuwagira abakulembeze b'amaddiini." }, { "english": "The parish celebrated its golden jubilee last year.", "luganda": "Essaza lyajaguza okuweza emyaka amakumi ataano omwaka oguwedde." }, { "english": "The community evaluated the ongoing projects.", "luganda": "Ab'ekitundu beekaliriza pulojekiti ezigenda maaso." }, { "english": "They strategized on how to generate more income.", "luganda": "Bakoze entegeka ku ngeri ey'okukolamu ssente ezisingako ." }, { "english": "The congregation raised some funds for the renovation of their church.", "luganda": "Abaakungaanye baasonze ssente z'okuddabiriza ekkanisa yaabwe." }, { "english": "The young generation should be encouraged to become priests.", "luganda": "Omulembe omuto guteekeddwa okukubirizibwa okufuuka ba Kabona." }, { "english": "The silver jubilee will be celebrated next year.", "luganda": "Okuweza emyaka amakumi abiri mu etaano kujja kujjaguzibwa omwaka ogujja." }, { "english": "People contributed towards the annual celebration.", "luganda": "Abantu basonze eri okujaguza kw'omwaka." }, { "english": "Social events were held to fundraise for the actual jubilee.", "luganda": "Emikolo gi mugattabantu gyakolebea okusonderako ssente za jubireewo" }, { "english": "The road to the parish should be constructed.", "luganda": "Oluguudo olugenda ku ssaza luteekeddwa okuzimbibwa." }, { "english": "People can not use a bus to reach the diocese due to the bad roads.", "luganda": "Abantu tebasobola kukozesa bbaasi kutuuka ku bulabirizi olw'enguudo embi ." }, { "english": "All landowners should register their land with the local council.", "luganda": "Bannanyini ttaka bonna bateekeddwa okuwandiisa ettaka lyabwe ne gavumenti ez'ebitundu." }, { "english": "Roads were constructed before declaring Lira a city.", "luganda": "Enguudo zaazimbibwa nga tebanaba kulangirira Lira nga ekibuga." }, { "english": "All village landowners met the local council chairman.", "luganda": "Bannannyini ttaka mu byalo baasisinkanye ssentebe wa gavumenti z'ebitundu." }, { "english": "Leaders are accountable to their voters.", "luganda": "Abakulembeze bavunaanyizibwa eri abaloonzi baabwe ." }, { "english": "People were sensitized about the economy.", "luganda": "Abantu basomesebwa ku by'enfuna." }, { "english": "All landowners were told to register at the district offices.", "luganda": "Bannanyini ttaka bonna baagambibwa okwewandiisa ku yafesi za disitulikiti.." }, { "english": "The project was aimed to improve the standard of living.", "luganda": "Pulojekiti yagenderera kutumbula mutindo gw'embeera z'abantu." }, { "english": "Leaders should fund community projects.", "luganda": "Abakulembeze bateekeddwa okuvujjirira pulojekiti z'ekitundu." }, { "english": "Everyone has a right to education.", "luganda": "Buli omu alina eddembe okusoma." }, { "english": "People dislike registering their land.", "luganda": "Abantu tebagaala kuwandiisa ttaka lyabwe." }, { "english": "All the family members disagreed with land registration.", "luganda": "Abantu b'omu maka bonna baawakanyizza eky'okuwandiisa ettaka." }, { "english": "The community has purchased some computers.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu baaguzeyo ku kompyuta." }, { "english": "The church funded the construction of the main road.", "luganda": "Ekkanisa yataddemu ssente mu kuzimba ekkubo ekkulu." }, { "english": "The church fundraised for road construction.", "luganda": "Ekkanisa yasonda ensimbi e'zokuzimba ekkubo." }, { "english": "Uganda is made up of several religions.", "luganda": "Uganda ekolebwa amadiini ag'enjawulo." }, { "english": "There are insufficient funds to construct a new building.", "luganda": "Ssente eziriwo tezimala kuzimba kizimbe kipya." }, { "english": "The church plans to put up a new building.", "luganda": "Ekkanisa eteekateeka okuteekawo kizimbe ekipya." }, { "english": "The building plan was presented to the congregation after prayers.", "luganda": "Pulaani y'ekizimbe yayanjulibwa olukungaana oluvannyuma lw'okusaba." }, { "english": "The building will be finished by the end of the year.", "luganda": "Ekizimbe kijja kuba kiwedde ku nkomerero y'omwaka guno." }, { "english": "They decided to construct the main offices first.", "luganda": "Basalawo okusooka okuzimba zi yafesi enkulu." }, { "english": "The funding will be enough to construct the whole building.", "luganda": "Ensimbi zijja kuba zimala okuzimba ekizimbe kyonna." }, { "english": "Fundraising sessions were held every day after prayers.", "luganda": "Akaseera k'okusonda kabeerangayo buli lunaku oluvannyuma lw'okusaba." }, { "english": "The Bishop urged everyone to contribute towards the construction of the new church.", "luganda": "Omulabirizi w'ekkanisa yasaba buli omu okuwaayo eri okuzimbibwa kw'ekkanisa empya." }, { "english": "Christians support church activities.", "luganda": "Abakulisito bawagira emirimu gy'ekkanisa." }, { "english": "The old structures will be broken down.", "luganda": "Ebizimbe ebikadde bijja kumenyebwa." }, { "english": "The main offices have cracks on them.", "luganda": "Yafesi enkulu zirina enjatika." }, { "english": "Northern Uganda held many festivals last week.", "luganda": "Obukiikakkono bwa Uganda bwalina ebikujjuko bingi sabbiiti ewedde." }, { "english": "The festivals were mainly cultural.", "luganda": "Ebikujjuko byali bya Buwangwa okusinga." }, { "english": "Northern Uganda has several tribes.", "luganda": "Obukiikakkono bwa Uganda buyina amawanga mangi." }, { "english": "Different regions grow different foods.", "luganda": "Ebitundu eby'enjawulo birima emmere ey'enjawulo" }, { "english": "Every region in Uganda has a staple food.", "luganda": "Buli kitundu mu Uganda kirina emmere gye kyettanira?" }, { "english": "Cultural food was served at the event.", "luganda": "Emmere ey'obuwangwa yagabibwa ku mukolo." }, { "english": "Girl child education should be promoted.", "luganda": "Okusoma kw'abaana abawala kuteekeddwa okutumbulwa." }, { "english": "Several associations have been started to support the girl child.", "luganda": "Ebibiina eby'enjawulo bitandikiddwawo okuyamba omwana omuwala." }, { "english": "There is inflation in the food market.", "luganda": "Waliwo emiwendo gy'emmere egikka ne girinya mu katale k'emmere." }, { "english": "Women had an empowerment session yesterday.", "luganda": "Abakyala baabadde nakaseera ak'okuzzibwamu amaanyi eggulo ." }, { "english": "They organized an event to welcome the tourists.", "luganda": "Baategese omukolo okwaniriza abalambuzi ." }, { "english": "The event involves a series of entertainment activities.", "luganda": "Omukolo guliko olukalala lw'ebisanyusa eby'enjawulo." }, { "english": "People were trained to entertain during the festival.", "luganda": "Abantu baatendekebwa okusanyusa mu kaseera k'ebikujjuko." }, { "english": "The girl child needs to be empowered and supported.", "luganda": "Omwana ow'obuwala yetaaga okuwagirwa nokuzibwamu amaanyi." }, { "english": "The aspirant to join the army collapsed and died.", "luganda": "Eyabadde ayagala okuyingira amagye yazirise n'afa." }, { "english": "The army aspirant died after the run was flagged off.", "luganda": "Eyabadde ayagala okuyingira amagye yafudde nga okudduka kutandise." }, { "english": "The death of the deceased occurred in the morning hours.", "luganda": "Okufa kw'omugenzi kwatuseewo mu ssaawa z'okumakya." }, { "english": "The deceased had epilepsy.", "luganda": "Omugenzi yabadde agwa ensimbu." }, { "english": "The doctors did everything but they were unable to rescue him.", "luganda": "Abasawo bakoze buli kimu naye tebaasobodde kumutaasa." }, { "english": "People with health complications were not supposed to join the cause.", "luganda": "Abantu abalina obuzibu ku bulamu babadde tebalina kugeyungamu ." }, { "english": "The army targets four thousand recruits.", "luganda": "Amagye galuubirira okuyingiza abantu enkumi nnya." }, { "english": "Recruitment is only for youth.", "luganda": "Okuyingizibwa kwa bavubuka bokka." }, { "english": "The minister sensitized people to embrace job creation instead of job seeking.", "luganda": "Minisita yasomesezza abantu okwaniriza okutondawo emirimu mu kifo ky'okuginoonya." }, { "english": "The country has high levels of unemployment and underemployment.", "luganda": "Eggwanga liyina ebbula ly'emirimu erya waggulu n'okusasulwa kw'abakozi okutono." }, { "english": "The students should be ready to work.", "luganda": "Abayizi bateekeddwa okuba abetegefu okukola ." }, { "english": "Students should engage in business activities instead of being lazy.", "luganda": "Abayizi bateekeddwa okwenyigira mu by'obusubuzi mu kifo ky'okubeera abanafu." }, { "english": "The minister was the chief guest at the graduation ceremony.", "luganda": "Minisita ye yabadde omugenyi omukulu ku mukolo gw'amattikira.." }, { "english": "University leaders cautioned students against involving in unlawful acts.", "luganda": "Abakulembeze ba ssetendekero baalabudde abayizi obuteetaba mu bikolwa ebimenya amateeka ." }, { "english": "Students should uphold integrity faith excellence diversity and creativity.", "luganda": "Abayizi bateekeddwa okukuuma amageziokukkirizaobuwanguzi okukyukakakyuka n'obuyiiya ." }, { "english": "The university mentors students to have a clear path towards success.", "luganda": "Ssetendekero abangula abayizi okuba n'amakubo amatangaavu eri obuwanguzi." }, { "english": "He explained that emphasis should be towards changing their mindset and not the degree.", "luganda": "Yannyonyola nti essira liteekeddwa okuteekebwa ku kukyuusa endowooza zaabwe wabula si ddiguli.." }, { "english": "A parish chief explained that they acquired the degrees to get promotions.", "luganda": "Omukulu w'esazza yannyonyola nti baafuna zi diguli okukuzibwa." }, { "english": "The graduands thanked their parents for the advice.", "luganda": "Abaatikiddwa beebazizza bazadde baabwe olw'okubawabula." }, { "english": "Police informed people to desist from any acts of criminality in this festive season.", "luganda": "Poliisi yategeeza abantu okwewala ebikolwa ebimenya amateeka mu kiseera kino eky'ebikujjukko." }, { "english": "The police sensitized people to embrace peace and harmony in this season.", "luganda": "Poliisi yakubirizza abantu okwaniriza emirembe n'obukakkamu mu kino ekiseera." }, { "english": "People should work with the police to secure the area.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okukola ne poliisi okukuuma ekitundu." }, { "english": "The police will arrest lawbreakers.", "luganda": "Poliisi ejja kusiba abamenyi b'amateeka ." }, { "english": "People should inform the police about criminal activities in the area.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okutegeeza poliisi ku bikolobero ebigenda mu maaso mu kitundu ." }, { "english": "The police will attack criminal hideouts.", "luganda": "Poliisi ejja kuzingako ebifo ebyekwekamu abamenyi b'amateeka." }, { "english": "The police will have no mercy on people who engage in criminal activities.", "luganda": "Poliisi tejja kusasira bantu benyigira mu bumenyi bw'amateeka ." }, { "english": "Police informed people to be aware of stolen items which are available on the market.", "luganda": "Poliisi yategezezza abantu okuba obulindaala ku bintu ebyabiddwa ebiri ku katale ." }, { "english": "People caught with stolen items will be charged in the courts of law.", "luganda": "Abantu abakwatibwa n'ebibbe bajja kuvunaanwa mu mbuga z'amateeka ." }, { "english": "People were warned against moving with money and interceptions of the criminals.", "luganda": "Abantu baalabulwa ku ky'okutambula ne ssente n'okuyimirizibwa abamenyi b'amateeka." }, { "english": "People should report anyone who owns a gun without a license.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okuloopa omuntu yenna ayina emmundu nga tayina layisinsi ." }, { "english": "A new bank has launched a branch in Arua.", "luganda": "Bbanka empya etongozza ettabi mu Arua ." }, { "english": "The bank has cemented its existence in the country.", "luganda": "Bbanka eggumizza okubaawo kwayo mu ggwanga." }, { "english": "The bank is foreign-owned.", "luganda": "Bbanka ya bagwira." }, { "english": "The bank has embraced the people of Uganda and wants to grow with them.", "luganda": "Bbanka eyanirizza abantu ba Uganda era eyagala ekule nabo." }, { "english": "The bank will not make any business partnerships.", "luganda": "Bbanka tejja kukola mikago gya byabusubuuzi gyonna." }, { "english": "The bank only requires stability to extend opportunities for the people of West Nile.", "luganda": "Bbanka eyagala butebenkevu bwokka okwongeza emikisa eri abantu ba West Nile ." }, { "english": "The bank will provide loans to small scale business.", "luganda": "Bbanka ejja kuwola ssente eri abo abalina bu bizinesi obutono." }, { "english": "Automated teller machines were introduced to simplify money transactions.", "luganda": "Ebyuma bi auto teller machine byaleetebwa okwanguya entambula y'ensimbi." }, { "english": "The government should create a conducive environment for business activities to take place.", "luganda": "Gavumenti eteekeddwa okutondawo embera ennungi emirimu gy'obusuubuzi okugenda mu maaso." }, { "english": "The parliament should reform the tax policy so that more people engage in business.", "luganda": "Paalamenti eteekeddwa okukyusa etteeka erikwata ku musolo abantu basobole okweyongera okwenyigira mu bizinesi." }, { "english": "This bank has come to help farmers in Uganda.", "luganda": "Eno bbanka ezze kuyamba balimi mu Uganda." }, { "english": "This bank's goal is to improve the lives of the common people.", "luganda": "Ebiruubirira bya bbanka eno kwe kutumbula obulamu bw'abantu babulijjo." }, { "english": "More people are embracing new products and services on the market.", "luganda": "Abantu abalala baanirizza eby'amaguzi ebipya n'obuweereza ku katale." }, { "english": "The bank has provided employment opportunities to the people in West Nile.", "luganda": "Bbanka ewadde abantu ba West Nile emirimu ." }, { "english": "The bank established agent and digital banking to extend banking services to the people.", "luganda": "Bbanka yatandiseewo enkola ya agenti ne digito banking okugaziya empereza zaayo eri abantu ." }, { "english": "People have supported the bank and its objectives.", "luganda": "Abantu bawagidde bbanka n'ebigendererwa byayo ." }, { "english": "The religious leaders have sensitized people to spend wisely in this festive season.", "luganda": "Abakulembeze b'ebyenzikiriza balina okusomesebwa ku ngeri y'okusaasaanya ssente n'amagezi mu kiseera ky'ebikujjuko kino ." }, { "english": "The bishop informed people to help those who are vulnerable.", "luganda": "Omulabirizi ategeezezza abantu okuyamba abo abanguyirwa okutuusibwako obuzibu ." }, { "english": "The bishop informed people to plan for their finances and their families properly.", "luganda": "Omulabirizi yategeeza abantu okuteekateeka ebyensimbi byabwe n'ebintu by'omu maka." }, { "english": "The bishop gave a very educative and informative message.", "luganda": "Omulabirizi yawadde obubaka obuyigiriza era obusomesa ." }, { "english": "The bishop condemned traditional ways of celebrating Christmas.", "luganda": "Omulabirizi yavumirira engeri z'okujaguza ssekukulu ez'obuwangwa." }, { "english": "People should not engage in any form of immoral activities.", "luganda": "Abantu tebateekeddwa kwenyigira mu bikolwa ebitali bya mpisa." }, { "english": "Jesus Christ died for our sins.", "luganda": "Yesu Krisito yafirira ebibi byaffe." }, { "english": "The diocese has different departments.", "luganda": "Obuwereza bulina ebitongole eby'enjawulo." }, { "english": "The bishop advocated for an increase in security within the area.", "luganda": "Omulabirizi yasabye okwongeza mu by'okwerinda mu kitundu ." }, { "english": "The bishop wished the congregation a happy festive season.", "luganda": "Omulabirizi yayagalizza abakungaanye ebiseera by'ebikujjuko ebirungi." }, { "english": "People should embrace purity just like Jesus Christ.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okwaniriza obutukuvu nga Yesu kulisitu." }, { "english": "People should safeguard their lives and property.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okukuuma obulamu bwabwe n'ebintu byabwe." }, { "english": "The bishop informed people to support church activities.", "luganda": "Omulabirizi yategezezza abantu okuwagira emirimu gy'ekkanisa." }, { "english": "The bishop informed the congregation to give in generously.", "luganda": "Omulabirizi yategezezza olukungaana okuwaayo n'omutima gumu." }, { "english": "People should give in the tithe.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okuwa ekimu eky'ekkumi." }, { "english": "People should give in what they can manage.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okuwa ekyo kye basobola." }, { "english": "People should not be forced to give and should give willingly with love.", "luganda": "Abantu tebateekeddwa kukakibwa kuwaayo era bateekeddwa okuwaayo nga beeyagalidde n'okwagala." }, { "english": "Men should assume their responsibilities in society.", "luganda": "Abasajja bateekeddwa okukkiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu kitundu ." }, { "english": "The woman still provides for her children despite her disabilities.", "luganda": "Omukyala akyagabirira abaana be newankubadde aliko obulemu ." }, { "english": "The lady conceived four children from two men.", "luganda": "Omukyala yali lubuto lwa baana bana okuva mu basajja babiri." }, { "english": "Men divorced her because she is disabled.", "luganda": "Abasajja bayawukana naye mu bufumbo kubanga aliko obulemu." }, { "english": "She has toiled to provide for her family.", "luganda": "Atobye okugabirira amakaage." }, { "english": "She is now working in a stone mine.", "luganda": "Kati akolera mu kirombe ky'amayinja." }, { "english": "She crushes these stones to get money and educate her children.", "luganda": "Akoona gano amayinja okufunamu ensimbi okusomesa abaana be ." }, { "english": "She gets money to finance the education of her children.", "luganda": "Afuna ssente asobole okusasulira abaana be basome ." }, { "english": "She prays to God to bless her with finances.", "luganda": "Asaba katonda amuwe omukisa gwa ssente ." }, { "english": "She got polio when she was young.", "luganda": "Yafuna ekirwadde ky'okugongobala nga muto." }, { "english": "The government officials did not help the lady.", "luganda": "Abakungu ba gavumenti tebaayamba mukyala ." }, { "english": "Most of the people with disabilities are drug addicts.", "luganda": "Abantu abaliko obulemu abasinga bakozesa ebiragalalagala." }, { "english": "These people are unproductive and cannot engage in business activities.", "luganda": "Abantu bano si ba mugaso era tebasobola kwetaba mu mirimu gya busuubuzi gyonna." }, { "english": "The district should create a stable environment for people to participate in the business.", "luganda": "Disitulikiti eteekeddwa okutondawo embeera entebenkevu abantu basobole okwetaba mu bizinesi." }, { "english": "People should be treated equally and should not be discriminated against.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okuyisibwa kyenkanyi era tebateekeddwa kusosolebwa." }, { "english": "Drug addicts are always idle with nothing to offer to their families.", "luganda": "Abakozesa ebiragalalagala babeera ba kireereese nga tebayina kyakuwa maka gaabwe." }, { "english": "People should understand that disability is not inability.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okukitegeera nti obulema si buteesobola." }, { "english": "The leaders encouraged men to work collectively and provide for their children.", "luganda": "Abakulembeze bakubiriza abasajjaa bakole bagabirire abaana baabwe." }, { "english": "Historicals need a special day from the government to celebrate their return from exile.", "luganda": "Bannabyafaayo beetaaga olunaku olw'enjawulo okuva mu gavumenti okujaganya okudda kwabwe okuva mu buwanganguse." }, { "english": "The former vice president solicited support for the President in West Nile.", "luganda": "Omumyuka w'omukulembeze w'eggwanga eyavaako yasaba obuwagizi bw'omukulembeze w'eggwannga mu West Nile." }, { "english": "People who had gone into exile would get an opportunity to unite.", "luganda": "Abantu abaali bagenze mu buwanganguse bafunanga omukisa okubeera awamu ." }, { "english": "The veterans agreed to stay united and harmonize with each other.", "luganda": "Abaazirwanako bakiriziganyizza okusigala ekitole n'okukwatagana na buli omu.." }, { "english": "The president invited the veterans to come back to Uganda.", "luganda": "Omukulembeze w'eggwanga yayita abaazirwanako okudda mu Uganda ." }, { "english": "The government will become more popular.", "luganda": "Gavumenti ejja kufuuka ya ttutumu." }, { "english": "The government has failed to fulfil the promises it made to the veterans.", "luganda": "Gavumenti eremereddwa okutuukiriza ebisuubizo bye yasuubiza abaazirwanako." }, { "english": "Most of these veterans are having poor standards of living.", "luganda": "Abaazirwanako abasinga bano bali mu mbeera y'obulamu embi ." }, { "english": "The resident district commissioner emphasized that the youths are the leaders of tomorrow.", "luganda": "Omubaka w'omukulembeze w'eggwanga yakkaatiriza nti abavubuka be bakulembeze b'enkya ." }, { "english": "The youths should learn from experienced elders.", "luganda": "Abavubuka bateekeddwa okuyigira ku bakulu abalina obumanyirivu ." }, { "english": "The district leaders should provide support for the refugees.", "luganda": "Abakulembeze ba zidisitulikikiti bateekeddwa okuwa abanoonyiboobubudamu obuyambi ." }, { "english": "All people should keep their animals locked.", "luganda": "Abantu bonna bateekeddwa okukuuma ensolo zaabwe nga nsibe." }, { "english": "The district should establish irrigation schemes and boreholes in the area.", "luganda": "Disitulikiti eteekeddwa okutandikawo eby'okufukirira ne nayikondo mu kitundu." }, { "english": "The people have problems with the water supply in the area.", "luganda": "Abantu balina obuzibu n'engabanya y'amazzi mu kitundu ." }, { "english": "The village assemblies have a responsibility of connecting and uniting the people.", "luganda": "Enkungaana z'omu byalo zirina obuvunaanyizibwa obwokuyunga n'okugatta abantu." }, { "english": "The people can speak out during community meetings.", "luganda": "Abantu basobola okwogera mu nkiiko z'ekyalo." }, { "english": "Agriculture is now carried out for commercial purposes.", "luganda": "Kati ebyobulimi n'obulunzi bikolebwa kufunamu ssente." }, { "english": "Bush burning destroys the environment.", "luganda": "Okwokya ensiko kwonona obutonde." }, { "english": "What is the role of local environmental committees?", "luganda": "Obukiiko bw'eby'obutonde bulina mulimu ki ?" }, { "english": "Despite the existence of laws people continue to defile them.", "luganda": "Newankubadde waliwo amateeka abantu bongera okugalinnyirira." }, { "english": "People continue to burn charcoal due to its existing demand.", "luganda": "Abantu bongera okwokya amanda olw'okusigala nga gaagalibwa." }, { "english": "In some societies local leaders pass authoritative orders.", "luganda": "Mu bitundu ebimu abakulembeze b'oku kyalo bayisa ebiragiro eby'obuyinza ." }, { "english": "To attach meaning to your words act on them.", "luganda": "Okussa amakulu ku bigambo byo bitambulireko." }, { "english": "Leaders can delegate to others.", "luganda": "Abakulembeze basobola okusigiza abalala" }, { "english": "Leaders influence their subordinates.", "luganda": "Abakulembeze bakyusa be bakulembera." }, { "english": "Do not go on threatening people around.", "luganda": "Togenda nga otiisatiisa abantu abetolodde ." }, { "english": "Diligent leaders change the community for the better.", "luganda": "Abakulembeze abamalirivu bakyuusa ekitundu ku lw'obulungi." }, { "english": "Farmers should take care of their animals.", "luganda": "Abalunzi bateekeddwa okulabirira ensolo zaabwe." }, { "english": "Is their need to make more laws?", "luganda": "Waliwo obwetaavu okukola amateeka amalala?" }, { "english": "Some commercial activities are a threat to the environment.", "luganda": "Eby'obusubuzi ebimu bya ntiisa ku butonde." }, { "english": "A car is a necessity for some people.", "luganda": "Emmotoka kyetaago ku bantu abamu." }, { "english": "Archdeacons are church ministers.", "luganda": "Bassaabadinkoni baminisita ba kkanisa." }, { "english": "Religions like catholic and Anglicans have administrative leadership that governs them.", "luganda": "Eddiini nga abakatoliki n'abangirikaani bayina obukulembeze obw'emitendera obubatwala ." }, { "english": "A personal car is of many benefits to the user.", "luganda": "Emmotoka ey'obwannanyini ya migaso mingi eri agikozesa ." }, { "english": "Development is a gradual process.", "luganda": "Enkulaakulana ya mitendera." }, { "english": "Some religious leaders have a low standard of living.", "luganda": "Abakulembeze b'eddiini abamu balina embeera y'obulamu embi." }, { "english": "Dreams if worked upon can be realised.", "luganda": "Ebirooto bwe bikolebwako bisobola okutuukirira ." }, { "english": "Politicians businessmen and religious leaders all have the power to stimulate developments.", "luganda": "Bannabyabufuzi abasuubuzi n'abakulembeze b'eddiini bonna balina amaanyi okusikiriza enkulaakulana ." }, { "english": "The community supports religious leaders in different ways.", "luganda": "Ekitundu kiyamba abakulembeze b'eddiini mu ngeri nyingi ." }, { "english": "It is possible to catch up with those that are ahead of you.", "luganda": "Kisoboka okusanga abo abakuli mu maaso ." }, { "english": "Cars assist in easing the ministry.", "luganda": "Emmotoka ziyamba mu kwanguya obuwereza ." }, { "english": "Thank God for all the good things.", "luganda": "Weebaze Katonda olw'ebirungi byonna ." }, { "english": "Motorcyclists are easily knocked down by vehicles on the road.", "luganda": "Abavuzi ba booda booda bakonebwa mangu emmotoka ku nguudo." }, { "english": "Teenagers should avoid taking alcohol.", "luganda": "Abattiini bateekeddwa okwewala okunywa omwenge ." }, { "english": "Families and the community at large are faced with many challenges.", "luganda": "Amaka n'abekitundu okutwaliza awamu basisinkana okusomozebwa kungi ." }, { "english": "Residents have a right to voice whatever they are not comfortable with.", "luganda": "Abatuuze balina olukusa okwogera ebyo bye batakkiriziganya nabyo." }, { "english": "Men should respect and care for their wives.", "luganda": "Abasajja bateekeddwa okussa ekitiibwa n'okulabirira bakyala baabwe ." }, { "english": "It is the responsibility of a man to take care of his wife and children.", "luganda": "Buvunaanyizibwa bwa musajja okulabirira mukyalawe n'abaana ." }, { "english": "He lost his respect in society all because of alcohol.", "luganda": "Yafiirwa ekitiibwa kye mu kitundu olw'okunywa omwenge ." }, { "english": "His spouse helped him to overcome alcohol addiction gradually.", "luganda": "Muganzi we yamuyamba okuva ku muze gw'okunywa omwengwe mpola mpola." }, { "english": "People need time and motivation to change.", "luganda": "Abantu beetaaga obudde n'ensonga ebavuga okukyuka ." }, { "english": "Adultery is not a solution.", "luganda": "Obwenzi si kwe kugonjoola." }, { "english": "How long should couples take in courtship?", "luganda": "Abagalana balina kumala bbanga ki mu kwogerezeganya?" }, { "english": "Underage boys and girls are those under the age of eighteen years.", "luganda": "Abaana abatanetuuka beebo abali wansi w'emyaka ekkumi n'omunaana ." }, { "english": "Parents are encouraged to go for different family planning methods.", "luganda": "Abazadde bakubirizibwa okukozesa enkola z'ekizaalaggumba." }, { "english": "Gender-based violence is common among women.", "luganda": "Obutabanguko obusinziira ku kikula ky'omuntu bungi nnyo mu bakazi." }, { "english": "Priests are ordained to serve God.", "luganda": "Ba Kabona bakakasibwa kuweereza Katonda." }, { "english": "Senior church leaders ordain priests and deacons.", "luganda": "Abakulembeze b'ekkanisa abakulu bakakasa ba Kabona n'abadinkoni." }, { "english": "Senior religious leaders ordain new ones into ministry.", "luganda": "Abakulembeze b'ekkanisa abakulu battikira abapya mu buwereza." }, { "english": "We ought to take God's ministry very seriously.", "luganda": "Tuyina okutwala obuweereza bwa Katonda nga kikulu nnyo." }, { "english": "As a Christian be mindful of your behaviour on earth.", "luganda": "Nga omukulisitu wegendereze enneyisa yo ku nsi ." }, { "english": "God loves people to work with their own hands.", "luganda": "Katonda ayagala abantu okukola n'emikono gyabwe." }, { "english": "Be a joyful and diligent worker.", "luganda": "Beera omukozi omusanyufu era omumalirivu." }, { "english": "God gave man the authority to rule over the world.", "luganda": "Katonda yawa omuntu obuyinza okufuga ensi yonna." }, { "english": "Your actions could be ministry before God.", "luganda": "Ebikolwa byo biyinza okuba obuwereza eri Katonda ." }, { "english": "We are all made in the image of God.", "luganda": "Fenna twakolebwa mu kifaananyi kya Katonda." }, { "english": "Give children the required basic needs.", "luganda": "Wa abaana ebyetaago ebikulu ebyetaagisa." }, { "english": "Religious leaders serve both God and man.", "luganda": "Abakulembeze b'eddiini bawereza Katonda n'omuntu." }, { "english": "The local leaders consulted the community before concluding.", "luganda": "Abakulembeze b'ekyalo bebuuza ku bantu nga tebanaba kukomekkereza ." }, { "english": "It takes money and time for development to take place.", "luganda": "Kitwala ssente n'obudde enkulaakulana okubeerawo ." }, { "english": "Maintaining cities is costly.", "luganda": "Okulabirira ebibuga kya buseere." }, { "english": "Road reserves are demarcated for future roads to be constructed.", "luganda": "Lizaavu z'engudo ziragibwa okulaga enguudo mu maaso wezinaakolebwa." }, { "english": "Sometimes using force on fellow humans is not necessary.", "luganda": "Emirundi egimu okukozesa amaanyi ku muntu munno tekyetaagisa." }, { "english": "Youths ought to work hard for their future.", "luganda": "Abavubuka basaanidde okukola ennyo ku lw'ebiseera byabwe eby'omu maaaso ." }, { "english": "Skilling youths help them create their own jobs.", "luganda": "Okubangula abavubuka kibayamba okwetonderawo emirimu." }, { "english": "The government should thoroughly create awareness for all its programs.", "luganda": "Gavumenti eteekeddwa okumanyisa entegeka zaayo wonna." }, { "english": "We have several divisions in Uganda.", "luganda": "Tulina ebibinja eby'enjawulo mu Uganda." }, { "english": "The land to be occupied was already demarcated.", "luganda": "Ettaka ery'okubeerako lyali lyalambibwa dda." }, { "english": "Trading activities encourage economic development.", "luganda": "Eby'obusuubuzi bikubiriza enkulaakulana mu by'enfuna." }, { "english": "The decisions you make today can greatly influence your future.", "luganda": "Okusalawo kw'okola leero kusobolera ddala okukosa ebiseera byo eby'omumaaso ." }, { "english": "The court has a right to rule over the action that needs to be done.", "luganda": "Kkooti eyina olukusa okufuga ekikolwa ekyetaaga okukolebwa ." }, { "english": "The warrant being a legal document it must be signed and dated.", "luganda": "Waalanti okubeera ekiwandiiko ekikkirizibwa mu mateeka kirina okussibwako omukono n'ennaku z'omwezi." }, { "english": "The applicant is one that started legal proceedings.", "luganda": "Eyasaba y'omu eyatandika olutuula lw'amateeka." }, { "english": "What do judges base on to conclude at a given judgement?", "luganda": "Abalamuzi basinzira kuki okusala omusango?" }, { "english": "Court orders must be submitted to.", "luganda": "Ebiragiro bya kkooti birina okugonderwa." }, { "english": "Everyone has a legal right to file a petition in court.", "luganda": "Buli omu alina olukusa mu mateeka okuwaba omusango mu kkooti." }, { "english": "Court has a right to issue a warrant of arrest.", "luganda": "Kkooti eyina olukusa okugaba ekipapula ki bakuntumye." }, { "english": "Lawyers act on behalf of their clients.", "luganda": "Ba puliida bakola ku lwabo be bawolereza." }, { "english": "Violence and riggings are common in elections.", "luganda": "Obutabanguko n'okuba obululu bingi nnyo mu kulonda." }, { "english": "Treason is a case charged to people that have betrayed their country.", "luganda": "Okulya mu nsi olukwe musango oguvunaanibwa abantu abalidde mu nsi yaabwe olukwe ." }, { "english": "The police investigated the theft case.", "luganda": "Poliisi yanoonyerezza ku musango gw'obubbi ." }, { "english": "We used the bus to travel from home to school.", "luganda": "Twakozesezza bbaasi okutambula okuva ewaka okudda ku ssomero ." }, { "english": "Police must confirm that certain incidents happened.", "luganda": "Poliisi erina okukakasa nti ebintu ebimu byatukawo." }, { "english": "The bus has set off from the bus terminal.", "luganda": "Bbaasi zisimbudde okuva mu kifo bbaasi we ziyimirira ." }, { "english": "Do not be careless at performing your rightful duties.", "luganda": "Tobeera mulagajjavu nga otuukiriza emirimu gyo ." }, { "english": "In case of any challenges faced at work report to the management.", "luganda": "Mu kusomoozebwa kwonna ku mulimu loopa eri abaabaddukanya." }, { "english": "Drivers drive cars buses lorries and trucks.", "luganda": "Abagoba bavuga emmotoka bbaasi loole ne bi lukululana." }, { "english": "Police charge a criminal by the law.", "luganda": "Poliisi evunaana omumenyi w'amateeka mu mateeka." }, { "english": "Why should I go for a mental checkup?", "luganda": "Lwaki nina okugenda okukeberebwa omutwe ." }, { "english": "We departed for the tour very early in the morning.", "luganda": "Twagenze okulambula ku maliiri ku makya.." }, { "english": "Relaxing on duty could cost one his job.", "luganda": "Okuwummulira ku mulimu kiyinza okuletera okufirwa omulimu gwo." }, { "english": "Guards ought to be strict in their roles.", "luganda": "Abakuumi basaanidde okufaayo ennyo mu mirimu gyamwe." }, { "english": "Security officers are usually armed.", "luganda": "Abakungu b'ebyokwerinda bulijjo baba n'ebyokulwanyisa." }, { "english": "Fatal accidents are common on busy roads.", "luganda": "Obubenje ddekabusa bungi nnyo ku nguuddo ezikozesebwa ennyo." }, { "english": "Road pavements should be upgraded to the satisfaction of pedestrians.", "luganda": "Ewatambulira ab'ebigere ku kkubo walina okutereezebwa okumatiza abatambuza ebigere." }, { "english": "Accidents are common on busy roads.", "luganda": "Obubenje bungi nnyo ku nguudo ezikozesebwa ennyo ." }, { "english": "Bad roads may most likely cause accidents.", "luganda": "Enguudo embi emirundi egisinga zireeta obubenje." }, { "english": "Rain causes some roads to flood with water.", "luganda": "Enkuba ereetera enguudo ezimu okujjula amazzi." }, { "english": "Children should be guided on the road.", "luganda": "Abaana bateekeddwa okulagirirwa ku kkubo." }, { "english": "Look left and right before crossing the road.", "luganda": "Tunula ku kkono ne ku ddyo nga tonnasala luguudo." }, { "english": "What causes accidents on the road?", "luganda": "Kiki ekireeta obubenje ku kkubo?" }, { "english": "Everyone should work hard to save a life.", "luganda": "Buli omu ateekeddwa okukola ennyo okutaasa obulamu ." }, { "english": "Pedestrians walk on road pavements.", "luganda": "Abatambuze batambulira ku pevumenti z'oku kkubo." }, { "english": "Society problems shall be acted on.", "luganda": "Ebizibu by'ekitundu bijja kukolebwako ." }, { "english": "Road contractors are given contracts to construct roads.", "luganda": "Abakwasibwa endagaano z'okuzimba amakubo baweebwa endagaano okuzimba amakubo ." }, { "english": "Over billions of money are used to fund road constructions.", "luganda": "Ensimbi ezisukka mu buwumbi bwa ssente zikozesebwa okuvujjirira okuzimba enguudo." }, { "english": "Consumption and sale of alcohol in sachets have been banned.", "luganda": "Okunywa n'okutunda omwenge gw'omubuveera biwereddwa." }, { "english": "Men who use violence against their female partners are likely to be using alcohol.", "luganda": "Abasajja abakozesa obukambwe ku bakyaala baabwe kiyinzika okuba nga banywa mwenge ." }, { "english": "Policy for gender-based violence has been launched.", "luganda": "Eteeka ku butabanguko mu maka okusinziira ku kikula litongozeddwa." }, { "english": "Local government plays an important role in the fight against gender-based violence.", "luganda": "Gavumenti z'ebitundu zikola omulimu gw'amaanyi mu kulwanyisa obutabanguko obwekuusa ku kikula ky'abantu." }, { "english": "So many relationships are damaged because of alcohol.", "luganda": "Enkolagana nyingi zikoseddwa olw'omwenge ." }, { "english": "Some people spend their largest proportion of time in bars drinking alcohol.", "luganda": "Abantu abamu bamala obudde bwabwe obusinga mu mabbaala nga banywa omwenge" }, { "english": "Parents who marry off their young daughters should be arrested.", "luganda": "Abazadde abafumbiza bawala baabwe abato bateekeddwa okusibwa ." }, { "english": "The minister promised to help in the prevention of violence in the community.", "luganda": "Minisita yasuubiza okuyamba mu kutangira obutabanguko mu kitundu." }, { "english": "The village elders will help in sensitizing the community about the dangers of alcohol.", "luganda": "Abakulu b'ekyalo bajja kuyamba okusomesa abantu b'omu kitundu ku kabi akali mu mwenge." }, { "english": "Some men and women are often reluctant to report violence cases.", "luganda": "Abasajja n'abakyala abamu emirundi egisinga bagayaala okuwaaba emisango gy'obutabanguko ." }, { "english": "Police should report and respond to gender-based violence once reached out.", "luganda": "Poliisi eteekeddwa okuloopa era n'okubaako kyekola ku butabanguko obwekuusa ku kikula ky'abantu bweba etuukiriddwa." }, { "english": "Some cultural institutions should be blamed for encouraging forced marriages.", "luganda": "Eby'obuwangwa ebimu biteekeddwa okunenyezebwa olwokukubiriza obufumbo obukake ." }, { "english": "Her husband badly beat her for abusing him in public.", "luganda": "Omwami we yamukubye nnyo olw'okumuvumira mu lujjudde lw'abantu ." }, { "english": "All the local bars should register themselves at the district town council.", "luganda": "Amabaala ga wansi gonna gateekeddwa okwewandiisa ku kakiiko ka disitulikiti." }, { "english": "Businesses which are not registered should not be allowed to operate.", "luganda": "Zi bizinesi ezitanaba kwewandiisa teziteekeddwa kukkirizibwa kukola ." }, { "english": "Women and girls' voices are often excluded from decision making.", "luganda": "Amaloboozi g'abakyala n'abaana ab'obuwala emirundi egisinga gaboolebwa mu kukola okusalawo." }, { "english": "Gender equality is important to achieve a peaceful society.", "luganda": "Omwenkanonkano gwa mugaso mu kufuna emirembe mu kitundu." }, { "english": "Empowering women encourages economic growth.", "luganda": "Okutumbula abakyala kukubiriza eby'enkulaakulana mu by'enfuna." }, { "english": "The village elders held a meeting to discuss how to achieve gender equality.", "luganda": "Abakulu b'ekyalo batuuzizza olukiiko okuteesa ku ngeri y'okuleetawo omwenkanonkano mu kikula ky'abantu ." }, { "english": "Students from different learning institutions are in a two days workshop.", "luganda": "Abayizi okuva mu matendekero g'ebyensoma ag'enjawulo bali mu kusoma okw'ennaku ebbiri." }, { "english": "Young girls between the age of fourteen and eighteen years must be in school.", "luganda": "Abawala abato abali wansi w'emyaka kkumi na ena n'omunaana alina okubeera mu ssomero." }, { "english": "Parents should observe and identify their children's talents.", "luganda": "Abazadde bateekeddwa okwekaliriza n'okuzuula ebitone by'abaana baabwe." }, { "english": "Women should participate in science and technology initiatives.", "luganda": "Abakyala bateekeddwa okwetaba mu buyiiya bwa sayansi ne tekinologiya ." }, { "english": "Uganda has partnered with organizations around the world to research education.", "luganda": "Uganda yeggase n'ebitongole ebyetoolodde ensi okunonyereza ku by'enjigiriza ." }, { "english": "Women voices should be represented in society.", "luganda": "Amaloboozi g'abakyala gateekeddwa okukiikirirwa mu kitundu ." }, { "english": "Discriminating women hinders them from advancing their careers.", "luganda": "Okusosola abakyala kubalemesa okwongera ku mirimu gyabwe" }, { "english": "Women have a right to higher education as men.", "luganda": "Abakyala bayina olukusa mu by'enjigiriza ebya waggulu nga abasajja." }, { "english": "Child daycare centres should be encouraged at all places of work.", "luganda": "Ebifo ebirabirira abaana biteekeddwa okukubirizibwa mu bifo ebikolebwamu ." }, { "english": "Women gender associations have been formulated in Uganda.", "luganda": "Ebibiina by'abakyala bigunjiddwawo mu Uganda." }, { "english": "Arua has been empowered with skills with job creation.", "luganda": "Arua etumbuddwa n'obukodyo obw'okwetonderawo emirimu ." }, { "english": "The organisation is training the youth to be job creators.", "luganda": "Ekitongole kiri mu kutendeka abavubuka okubeera abatonzi b'emirimu ." }, { "english": "There is a youth organisation in our village teaching youths how to make mats.", "luganda": "Waliwo ekitongole ky'abavubuka ku kyalo kyaffe ekisomesa abavubuka okukola emikeeka ." }, { "english": "Government is leasing one hundred acres of land for the construction of industries.", "luganda": "Gavumenti egaba liizi ya yiika z'ettaka kikumi okuzimba amakolero ." }, { "english": "The industrial centre will be a skilling centre for the youth.", "luganda": "Ekifo ky'amakolero kijja kuba kifo kya kubangula abavubuka ." }, { "english": "It will help to prepare the youth with skills to succeed in today's economy.", "luganda": "Kijja kuyamba okuteekateeka abavubuka n'obukugu okuwangula ebyenfuna byaleero ." }, { "english": "The trained youth should be given space for employment.", "luganda": "Abavubuka abatendekeddwa bateekeddwa okuwebwa ekifo ky'emirimu ." }, { "english": "The people in the community were delighted with the government's involvement.", "luganda": "Abantu mu kitundu basiimye gavumenti olw'okwetabamu." }, { "english": "It will help to reduce unemployment in the youth.", "luganda": "Kijja kuyamba okukendeeza obutaba na mirimu mu bavubuka ." }, { "english": "The mayor urged the youth to develop their talents.", "luganda": "Mmeeya yasabye abavubuka okutumbula ebitone byabwe ." }, { "english": "Skilling development helps to improve standards of living.", "luganda": "Okubangula mu bukugu nkulaakulana eyamba okutumbula omutindo gw'embeera y'abantu ." }, { "english": "The leaders need to solve the unemployment gap in the district.", "luganda": "Abakulembeze beetaaga okugonjoola eddibu ery'ebbula ly'emirimu mu disitulikiti ." }, { "english": "Refugees have been empowered to work on several practical projects.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu badiziddwaamu amaanyi okukola ku pulojekiti ez'enjawulo." }, { "english": "In the past month several youths have been trained in computer skills.", "luganda": "Omwezi oguwedde abavubuka abasinga batendekebwa mu nkozesa ya kompyuta." }, { "english": "Some members of parliament were happy when parliament approved new cities for the country.", "luganda": "Ba mmemba ba paalamenti baasanyuka nga paalamenti eyisizza ebibuga ebipya mu ggwanga ." }, { "english": "Other members did not support the approval of these cities.", "luganda": "Ba mmemba abalala tebawagidde kuyisa bibuga bino." }, { "english": "There is an increase in land grabbing in Uganda.", "luganda": "Waliwo okweyongera mu kibba ttaka mu Uganda." }, { "english": "Questions rose about the funding of these cities since the creation didn't have a budget.", "luganda": "Ebibuuzo byabuuziddwa ku kuvujjirira kw'ebibuga bino okuva mu ku bitondawo obutaba na mbalirira." }, { "english": "Candidates who were not nominated in the party primaries decided to contest independently.", "luganda": "Abesimbawo abataalondebwa mu kamyufu k'ebibiina baasalawo okwesimbawo ku bwannamunigina." }, { "english": "A political party was sued for selecting aspirants in a constituency that doesn't exist.", "luganda": "Ekibiina ky'ebyobufuzi kyaloopebwa olw'okulonda abesimbyewo mu kitundu ekitaliiwo ." }, { "english": "Two families have been quarrelling over land for some years.", "luganda": "Amaka ga mirundi ebiri gabadde gayomba olw'ettaka okumala emyaka egiwerako ." }, { "english": "Winning an election in Arua is important.", "luganda": "Okuwangula akalulu mu Arua ky'amakulu ." }, { "english": "Every new city in Uganda needs to be planned for.", "luganda": "Buli kibuga ekipya mu Uganda kyetaaga okutegekerwa." }, { "english": "It would be good if election rigging does not occur this year.", "luganda": "Kyandibadde kirungi singa okubba obululu tekubaawo guno omwaka ." }, { "english": "The new cities will require leadership before elections.", "luganda": "Ebibuga ebipya bijja kwetaaga abakulembeze abapya nga okulonda tekunnabaawo ." }, { "english": "There is no desire to change the current status of things.", "luganda": "Tewali kwegomba kwa kukyuusa embeera y'ebintu eriwo kati." }, { "english": "It is not yet confirmed that Fortportal is a city of its own.", "luganda": "Tekinnaba ku kakasibwa nti fort portal kibuga ku bwaakyo ." }, { "english": "Arua municipality is located in the North West region of Uganda.", "luganda": "Munisipaali ya Arua esangibwa mu bukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "Elections enable people to select the leaders they love.", "luganda": "Okulonda kusobozesa abantu okulonda abakulembeze be baagala ." }, { "english": "The local chairpersons are at the centre of service delivery in Uganda.", "luganda": "Ba ssentebe b'okubyalo y'ensibuko y'okutuusa empeereza mu Uganda ." }, { "english": "The government has to decide on the fate of the new districts.", "luganda": "Gavumenti erina okusalawo ku bulamu bwa disitulikiti empya." }, { "english": "The new districts have to provide all the information required by the funding bodies.", "luganda": "Disitulikiti empya zirina okuleeta obubaka bwonna obwetagibwa ebitongole ebivujjirira ensmbi." }, { "english": "Kampala is projected to become a mega-city.", "luganda": "Kampala etegekeddwa okufuuka ekibuga gaggadde." }, { "english": "A road map guides you towards accomplishing the preset goals.", "luganda": "Enteekateeka ennungi ekulambika nga ekuzza mu kutuukiriza ebigendererwa." }, { "english": "It will get to know potential problems/opportunities at their earliest stage of development.", "luganda": "Kijja kumanyisa ebizibu/ebirungi ku mutendera gwabyo ogwa wansi mu nkulaakulana." }, { "english": "The cities will commence operations next month.", "luganda": "Ebibuga bijja kweyongerayo n'emirimu gyabwo omwezi ogujja" }, { "english": "The cities have been allowed to start building roads.", "luganda": "Ebibuga bikiriziddwa okutandika okuzimba enguudo." }, { "english": "The cities have to be given new leaders.", "luganda": "Ebibuga birina okuweebwa abakulembeze abapya ." }, { "english": "The chairman briefed the leaders on the new city developments.", "luganda": "Ssentebe yannyonnyola abakulembeze ku nkulaakulana z'ekibuga ekipya ." }, { "english": "People are not happy with the proposed district merges.", "luganda": "Abantu si basanyufu n'ekiteeso ky'okugatta zi disitulikiti ." }, { "english": "The new districts have a very high population.", "luganda": "Disitulikiti empya zirina omuwendo gw'abantu mungi." }, { "english": "The women representatives will be increased to four.", "luganda": "Abakiikirira abakyala bajja kwongerwako okutuuka ku bana." }, { "english": "Some districts have a high number of voters.", "luganda": "Disitulikiti ezimu zirina omuwendo gw'abalonzi ogwa waggulu ." }, { "english": "The people need to be given equal representation at the district.", "luganda": "Abantu beetaaga okukiikirirwa eky'enkanyi ku disiturikiti ." }, { "english": "The district leaders did not have any complaints at the meeting yesterday.", "luganda": "Abakulembeze ba diisitulikiti tebaabadde na kwemulugunya kwonna mu lukiiko eggulo ." }, { "english": "The district leaders have appealed to people to be calm.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti basabye abantu okubeera abakakkamu." }, { "english": "The court accepted that it is true and there is evidence for it.", "luganda": "Kkooti yakkiriza nti kituufu era waliwo obujulizi bwakyo ." }, { "english": "People poverty and disaster risks are increasingly concentrated in the cities.", "luganda": "Abantuobwavu n'ebibamba byeyongera okuwera mu bibuga ." }, { "english": "The young ones are the future leaders of tomorrow.", "luganda": "Abato be bakulembeze b'enkya ." }, { "english": "Living in a city has a lot of disadvantages.", "luganda": "Okubeera mu kibuga kirimu ebibi bingi ." }, { "english": "The community leaders need to speak with one voice.", "luganda": "Abakulembeze b'ekitundu beetaaga okwogera n'eddoboozi limu ." }, { "english": "A total of two hundred refugees have trained in bricklaying activities.", "luganda": "Omugatte gw'abanoonyiboobubudamu bibiri gutendekeddwa mu kukuba amatafaali ." }, { "english": "They had their graduation ceremony last Wednesday.", "luganda": "Baayina omukolo gw'amatikkira olw'okusatu oluwedde." }, { "english": "The project has sponsored girls to study abroad.", "luganda": "Pulojekiti evujjiridde abawala okusomera mu nsi z'ebweru ." }, { "english": "The program head says there are twelve new programs the school.", "luganda": "Omukulu w'entegeka agamba nti waliwo entegeka kkumi na bbiri empya ez'essomero." }, { "english": "The university held the sixth graduation ceremony.", "luganda": "Ssettendekero yalina omukolo gw'amattikira ogw'omukaaga." }, { "english": "Many boys in the district are good at carpentry work.", "luganda": "Abalenzi abasinga ku disitulikiti balungi mu kubajja." }, { "english": "The minister has worked closely with the local leaders to develop the youths.", "luganda": "Minisita akoledde wamu n'abakulembeze b'ekitundu okukulaakulanya abavubuka." }, { "english": "The person in charge of this training is very experienced in the field.", "luganda": "Omuntu avunaanyizibwa ku kutendeka kuno mumanyirivu nnyo mu kisaawe ." }, { "english": "Parents bought all craft items made by students in last year's graduation.", "luganda": "Abazadde baagula eby'emikono byonna abayizi bye bakola mu kutikkirwa kw'omwaka oguwedde ." }, { "english": "I have seen a difference in her lifestyle after the training.", "luganda": "Ndabye enjawulo ku ngeri jakwasaganya obulamu bwe oluvannyuma lw'okutendekebwa" }, { "english": "The lady makes sweaters for nursery children.", "luganda": "Omukyala akola amasweeta g'abaana ba nasale ." }, { "english": "She was able to help with the siblings' education.", "luganda": "Yasoboddde okuyamba ku by'enjigiriza bya b'oluganda ." }, { "english": "The man is trying to get a better place for his daughter.", "luganda": "Omusajja agezaako okufunira omwana we ekifo ekisingako." }, { "english": "Trainees have been empowered with cake making skills.", "luganda": "Abatendekebwa batumbuddwa n'obukugu bw'okukola zi kkeeki ." }, { "english": "I can make money out of chapati selling business.", "luganda": "Nsobola okukola ssente okuva mu mulimu gw'okutunda capati ." }, { "english": "I can now afford to support my family.", "luganda": "Kati nsobola okulabirira ab'omumaka gange." }, { "english": "Training opportunities should be provided to empower refugees.", "luganda": "Emikisa gy'okutendekebwa giteekeddwa okuweebwa okutumbula abanoonyiboobubudamu" }, { "english": "The refugees should be able to grow their own food for their families.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu bateekeddwa okuba nga basobola okulimira abantu b'omu maka gaabwe emmere." }, { "english": "The beneficiaries should use to keep their equipment safe.", "luganda": "Abakifunamu bateekeddwa okukuuma ebikozesebwa byabwe obulungi" }, { "english": "The women empowerment project was implemented in Gulu.", "luganda": "Pulojekiti y'okutumbula abakazi yateekebwa mu nkola e Gulu." }, { "english": "Fishers carry out fishing activities at the landing site.", "luganda": "Abavubi bavubira ku mwalo." }, { "english": "The government aims at establishing new infrastructures in Moyo district.", "luganda": "Gavumenti egenderera okuteekawo emizimbo emipya mu disitulikiti y'e Moyo." }, { "english": "The district provided tax holidays to local investors to encourage trade in the area.", "luganda": "Disitulikiti yawummuza okugyako omusolo eri bannansi abasiga nsimbi okukubiriza eby'obusuubuzi mu kitundu." }, { "english": "The government has equipped districts with new computers and machines.", "luganda": "Gavumenti ewadde disitulikiti kompyuta n'ebyuma ebipya." }, { "english": "The district encouraged people to embrace the new technology in the district.", "luganda": "Disitulikiti yakubiriza abantu okwaniriza tekinologiya omupya mu disitulikiti." }, { "english": "The resident district commissioner has forwarded people's challenges to the president.", "luganda": "Akikirira omukulembeze w'eggwanga mu disitulikiti awaddeyo ebisoomoza abantu eri omukulembeze w'eggwanga." }, { "english": "The people are computer literates.", "luganda": "Abantu bayivu mu bya kompyuta." }, { "english": "The new technology will improve communication among government agencies.", "luganda": "Tekinologiya omupya ajja kulongoosa empulizigannya mu bitongole bya gavumenti." }, { "english": "Information communication technology will be introduced in schools.", "luganda": "Okusoma kompyuta kujja kutandikibwa mu masomero." }, { "english": "The technology will help the district to ensure proper record keeping.", "luganda": "Tekinologiya ajja kuyamba disitulikiti okukakasa enkuuma y'ebiwandiiko ennungi." }, { "english": "Experts were contracted to connect the communication cables throughout the region.", "luganda": "Abakugu bapangisibwa okuyunga waya z'empuliziganya mu kitundu kyonna." }, { "english": "The government aims at enhancing technological innovations at the local government level.", "luganda": "Gavumenti eruubirira okutumbula obuyiiya mu tekinologiya ku mutendera gwa gavumenti z'ebitundu." }, { "english": "The technology requires the installation of underwater cables.", "luganda": "Tekinologiya yetaaga okutekamu waya z'amazzi eza wansi." }, { "english": "One kilometre cables will be placed through river Nile from Adjumani to Moyo district.", "luganda": "Waya za kiromita emu zijakutekebwawo nga ziyita mu mugga gwa Nile okuva Adjumani okutuuka mu disitulikiti y'e Moyo." }, { "english": "The installation of the cables will be completed in February two thousand twenty.", "luganda": "Waya zijja kuba nga zimaze okuteekebwayo mu gwokubiri enkumi bbiri mu abairi." }, { "english": "The engineers said that cable installation would not affect water transport.", "luganda": "Bayinginiya bagambye nti okuteekebwayo kwa waya tekujja kukosa ntambula ya ku mazzi." }, { "english": "There is an outbreak of yellow fever in Moyo district.", "luganda": "Waliwo okubalukawo kw'omusujja gw'enkaka mu disitulikiti y'e Moyo." }, { "english": "Three people have died of yellow fever in the area.", "luganda": "Abantu basatu bafudde omusujja gw'enkaka mu kitundu" }, { "english": "There is a constant testing of people against yellow fever.", "luganda": "Waliwo okukebera abantu omusujja gw'enkaka olutatadde" }, { "english": "Most of the contacts of yellow fever have tested negative.", "luganda": "Abantu abaaliko n'abaazuulibwamu omusujja gw'enkaka tebazuuliddwamu nkaka." }, { "english": "The district lacks finances to monitor positive and suspected cases of yellow fever.", "luganda": "Disitulikiti telina ssente za kulondoola abalwadde n'abo abateeberezebwa okuba abalwadde b'omusujja gw'enkaka." }, { "english": "The government allocated thirteen billion towards containing yellow fever.", "luganda": "Gavumenti yawaayo obuwumbi obuse kkumi na busatu okukwasaganya omusujja gw'enkaka." }, { "english": "The district leaders informed people to join the fight against yellow fever.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti baategeeza abantu okweyunga mu kulwanyisa omusujja gw'enkaka." }, { "english": "The district health department will carry out a yellow fever vaccination.", "luganda": "Ekitongole ky'ebyobulamu ku disitulikiti kijja kugema abantu omusujja gw'enkaka." }, { "english": "The district leaders have sensitized people to guard themselves against yellow fever.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti baasomesezza abantu okwekuuma omusujja gw'enkaka." }, { "english": "Moyo general hospital does not have an effective isolation facility.", "luganda": "Eddwaliro ly'e Moyo ekkulu terilina kifo kirungi awakuumirwa abateeberezebwa okuba n'obulwadde." }, { "english": "The hospital lacks equipment for transporting blood samples.", "luganda": "Eddwaliro teririna bintu bya kutambulizaamu samopolo z'omusaayi." }, { "english": "The district health department should purchase tool boxes for transporting blood samples.", "luganda": "Ekitongole ky'ebyobulamu ekya disitulikiti kiyina okugula akasanduuko omuli ebintu omutambuzibwa sampolo z'omusaayi." }, { "english": "The people who bury yellow fever victims do not have protective equipment.", "luganda": "Abantu abaziika abafudde omusujja gw'enkaka tebalina bintu bibatangira bulwadde." }, { "english": "District leaders have given psycho-social support to families that have lost the dear ones.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti bawadde obuyambi bw'obwongo eri amaka agaafiiriddwako abaagalwa abaabwe." }, { "english": "The district health department has motivated medical personnel.", "luganda": "Ekitongole kya disitulikiti eky'ebyobulamu kizzizzaamu abasawo amaanyi." }, { "english": "Leaders are elected to serve the people.", "luganda": "Abakulembeze balondebwa kuweereza bantu." }, { "english": "Politicians in the district are greedy and selfish.", "luganda": "Bannabyabufuzi mu disitulikiti balina omululu n'okweyagaliza." }, { "english": "Most of the people in the district are illiterate.", "luganda": "Abantu abasinga mu disitulikiti tebamanyi kusoma n'okuwandiika." }, { "english": "The district education officer should boost education services in the area.", "luganda": "Omukungu w'ebyenjigiriza mu disitulikiti alina okutumbula ebyenjigiriza mu kitundu." }, { "english": "The Archbishop celebrated the Eucharistic mass in Moyo Catholic parish.", "luganda": "Ssaabasumba yayimbye mmisa ya wukalisitiya ku kigo ky'abakulisitaayo e Moyo." }, { "english": "People in Northern Uganda are disunited.", "luganda": "Abantu mu bukiikakkono bwa Uganda tebali bumu." }, { "english": "Christians should have their faith and trust in God.", "luganda": "Abakulisitaayo balina okuteeka okukkiriza n'obwesigwa bwabwe mu Katonda." }, { "english": "People should work together to enhance development in the region.", "luganda": "Abantu balina okukolera awamu okusobola okuleetawo enkulaakulana mu kitundu." }, { "english": "Christians should embrace the gospel for it will change their lives.", "luganda": "Abakulisitaayo balina okwaniriza enjiri kuba ejja kukyusa obulamu bwabwe." }, { "english": "Christians should focus on the future to meet their social obligations.", "luganda": "Abakulisitayo balina okussa esiira ku biseera by'omu maaso okusobola okutuuka ku bye baagalira awamu." }, { "english": "People should confess their sins to God.", "luganda": "Abantu balina okwenenya ebibi byabwe eri Katonda." }, { "english": "People should work hard if they are to improve their well being.", "luganda": "Abantu balina okukola ennyo bwe baba nga baakutumbula embeera z'obulamu bwabwe." }, { "english": "Christians are preaching the gospel of unity and love.", "luganda": "Abakulisitaayo babuulirira enjiri ey'obumu n'okwagala." }, { "english": "Northern Uganda is poorly developed.", "luganda": "Obukiikakkono bwa Uganda buli bubi mu by'enkulaakulana." }, { "english": "People should use the resources at their disposal and engage in business activities.", "luganda": "Abantu balina okukozesa ebintu bye balina okwenyigira mu byobusuubuzi." }, { "english": "Leaders should have collective decision making.", "luganda": "Abakulembeze balina okusalawo awamu." }, { "english": "Yellow fever is spreading in the district gradually.", "luganda": "Omusujja gw'enkaka gusaasaana mu disitulikiti mpola mpola." }, { "english": "Fifteen people have contracted the disease.", "luganda": "Abantu kkumi na bataano bakwatiddwa obulwadde." }, { "english": "People with yellow fever have been thrown into isolation.", "luganda": "Abantu abalina omusujja gw'enkaka baawuddwa." }, { "english": "People have lost their lives after the yellow fever outbreak.", "luganda": "Abantu bafiiriddwa obulamu bwabwe oluvannyuma lw'okubalukawo kw'omusujja gw'enkaka." }, { "english": "Refugees have been affected by yellow fever.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu bakoseddwa omusujja gw'enkaka." }, { "english": "The district lacks a standing laboratory to cross-examine yellow fever samples.", "luganda": "Disitulikiti teyina kkeberero liri ku mutindo okwekebejja sampolo z'omusujja gw'enkaka." }, { "english": "The district lacks medical personnel to contain the yellow fever disease.", "luganda": "Disitulikiti terina basawo kuziyiza obulwadde bw'omusujja gw'enkaka." }, { "english": "The district ambulance lacks fuel.", "luganda": "Emmotoka ya disitulikiti etambuza abalwadde terina mafuta." }, { "english": "The district lacks funds to inform people about the dangers of yellow fever.", "luganda": "Disitulikiti terina ssente okumanyisa abantu ku kabi akali mu musujja gw'enkaka." }, { "english": "People should sleep under treated mosquito nets.", "luganda": "Abantu balina okwebaka mu butimba bw'ensiri obulimu eddagala." }, { "english": "District leaders are confident of containing yellow fever because they contained Ebola and cholera.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti bagumu ku kuziyiza omusujja gw'enkaka kubanga baasobola okuziyiza Ebola ne kkolera." }, { "english": "People have been informed of the symptoms of yellow fever.", "luganda": "Abantu baabuuliddwa ku bubonero bw'omusujja gw'enkaka." }, { "english": "People should remain calm and let the ministry of health manage the situation.", "luganda": "Abantu balina okusigala nga bakkakkamu balekera minisitule y'ebyobulamu okukwasaganya embeera." }, { "english": "Yellow fever is transmitted through bites of mosquitoes.", "luganda": "Omusujja gw'enkaka gusaasaanyizibwa nga guyita mu nsiri okukuluma." }, { "english": "The symptoms of yellow fever include vomiting headache and fatigue.", "luganda": "Obubonero bw'omusujja gw'enkaka mulimu okusesema okulumwa omutwe n'obunafu." }, { "english": "People are frightened because of the yellow fever outbreak in the area.", "luganda": "Abantu batidde olw'okubalukawo kw'omusujja gw'enkaka mu kitundu." }, { "english": "The minister of health confirmed the yellow fever outbreak.", "luganda": "Minisita w'ebyobulamu yakakasizza okubalukawo kw'omusujja gw'enkaka." }, { "english": "Moyo and Buliisa are the districts affected by yellow fever.", "luganda": "Moyo ne Buliisa ze disitulikiti ezikoseddwa omusujja gw'enkaka." }, { "english": "People were advised to report any person with symptoms of yellow fever.", "luganda": "Abantu baweereddwa amagezi okuloopa omuntu yenna alina obubonero bw'omusujja gw'enkaka." }, { "english": "There is deforestation in Moyo district.", "luganda": "Waliwo okutema kw'emiti mu disitulikiti y'e Moyo." }, { "english": "Yellow fever weakens the body.", "luganda": "Omusujja gw'enkaka gunafuya omubiri." }, { "english": "Yellow fever samples are tested from the Uganda Virus Research Institute.", "luganda": "Sampolo z'omusujja gw'enkaka zikeberebwa ku kitongole kya Uganda ekikebera obuwuka." }, { "english": "People should isolate themselves to control the spread of yellow fever.", "luganda": "Abantu balina okweyawula okuziyiza okusaasaana kw'omusujja gw'enkaka." }, { "english": "People are panicking over the outbreak of yellow fever.", "luganda": "Abantu bapapa olw'okubalukawo kw'omusujja gw'enkaka." }, { "english": "The ministry of health has deployed its medical experts to combat yellow fever.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu etaddewo abasawo baayo abakugu okumalawo omusujja gw'enkaka." }, { "english": "People should avoid contact with people who have died of yellow fever.", "luganda": "Abantu balina okwewala okukwata kw'abo abafudde omusujja gw'enkaka." }, { "english": "Yellow fever is a very dangerous disease.", "luganda": "Omusujja gw'enkaka bulwadde bwa bulabe nnyo." }, { "english": "The district medical department carried out investigations about the yellow fever outbreak.", "luganda": "Ekitongole kya disitulikiti eky'ebyobulamu kyakoze okunoonyereza ku kubalukawo kw'omusujja gw'enkaka." }, { "english": "The Ministry of Health carried out an active search for yellow fever cases.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu yakola okunoonyereza okw'amagu ku balwadde b'omusujja gw'enkaka." }, { "english": "The Ministry of Health has provided people with mosquito nets.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu ewadde abantu obutimba bw'ensiri." }, { "english": "Travellers should be vaccinated against yellow fever.", "luganda": "Abatambuze balina okugemebwa omusujja gw'enkaka." }, { "english": "People lack treated mosquito nets.", "luganda": "Abantu tebalina butimba bw'ensiri obulimu eddagala." }, { "english": "People should cooperate with the medical teams.", "luganda": "Abantu balina okukolagana ne ttiimu y'abasawo." }, { "english": "The Ministry of Health provided a phone number to acquire information about yellow fever.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu yataddewo ennamba y'essimu okufuna obubaka obukwata ku musujja gw'enkaka." }, { "english": "Cultural leaders lack funds to register their cultural institutions.", "luganda": "Abakulembeze b'ennono tebalina ssente okuwandiisa amatendekero gaabwe ag'ebyobuwangwa." }, { "english": "Cultural leaders should follow legal guidelines.", "luganda": "Abakulembeze b'ennono balina okugoberera okulambikibwa kw'amateeka." }, { "english": "Madi people want to legalise their cultural institution.", "luganda": "Abantu b'e Madi baagala okutongoza amatendekero gaabwe ag'ebyobuwangwa mu mateeka." }, { "english": "Cultural leaders are greedy and selfish.", "luganda": "Abakulembeze b'ennono balina omululu n'okweyagaliza." }, { "english": "There is disunity among cultural institutions in the area.", "luganda": "Waliwo obutali bumu mu matendekero g'ebyobuwangwa mu kitundu." }, { "english": "There are conflicts within the cultural administration.", "luganda": "Waliwo obukuubagano mu bukulembeze bw'ennono." }, { "english": "People have conflicted over the rightful chief of the Madi people.", "luganda": "Abantu baakuubaganye ku mukulembeze w'abantu b'e Madi omutuufu." }, { "english": "Cultural leaders have failed to cooperate.", "luganda": "Abakulembeze b'ennono balemeddwa okukwatagana." }, { "english": "Elders asserted that the Madi people would not develop if they are disunited.", "luganda": "Abakulu bakkaatiriza nti abantu b'e Madi tebajja kukulaakulana bwe bataakwatagane." }, { "english": "Cultural leaders should mobilise the people to ensure the development of their communities.", "luganda": "Abakulembeze b'ennono balina okukunga abantu okusobozesa okukulaakulanya ebitundu byabwe." }, { "english": "The district leaders should help in the organisation of cultural institutions.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti balina okuyambako mu kuteekateeka ebifo by'ebyobuwangwa." }, { "english": "Some politicians have intentions of weakening cultural institutions.", "luganda": "Bannabyabufuzi abamu balina ebigendererwa eby'okunafuya ebifo by'ebyobuwangwa." }, { "english": "The district leaders have made efforts to unite members in society.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti bafuddeyo okugatta abantu mu kitundu." }, { "english": "The district organised meetings to solve the disputes among the people.", "luganda": "Disitulikiti yategeka enkiiko okumalawo obutakkaanya mu bantu." }, { "english": "Traditional leaders are disunited and lack coordination.", "luganda": "Abakulembeze b'ennono tebali bumu era babulamu okukwatagana." }, { "english": "There is drug abuse among school-going children.", "luganda": "Waliwo okukozesa ebiragalalagala mu baana abasoma." }, { "english": "School management should enforce school rules and regulations.", "luganda": "Abakulembera essomero balina okukkwasisa amateeka g'essomero n'ebigobererwa." }, { "english": "Schools should punish indisciplined students.", "luganda": "Amasomero galina okubonereba abayizi abatalina mpisa." }, { "english": "Parents have failed to advise their children on what is right and wrong.", "luganda": "Abazadde balemeddwa okubuulirira abaana baabwe ku kiki ekituufu n'ekikyamu." }, { "english": "Many students were suspended for abusing drugs.", "luganda": "Abayizi bangi baagobeddwa ku lwa kukozesa ebiragalalagala." }, { "english": "Students were told not to drink alcohol.", "luganda": "Abayizi baagambiddwa obutanywa mwenge." }, { "english": "Students' phones were confiscated.", "luganda": "Essimu z'abayizi zaawambiddwa." }, { "english": "My parents told me to follow the school rules.", "luganda": "Bazadde bange bangamba okugoberera amateeka g'essomero." }, { "english": "We were told to dress decently.", "luganda": "Baatugamba okwambala obulungi." }, { "english": "People should not take nude pictures.", "luganda": "Abantu tebalina kwekubya bifaananyi nga bali bwerere." }, { "english": "I have outgrown my school uniform.", "luganda": "Yunifoomu yange ey'essomero endeseewo." }, { "english": "Most disciplined students succeed.", "luganda": "Abayizi b'empisa abasinga bawangula." }, { "english": "One's family background may affect their performance at school.", "luganda": "Ewaka omuntu gy'ava gayinza okukosa engeri gye bakolamu mu ssomero." }, { "english": "Her son was expelled from school because of bullying others.", "luganda": "Mutabani we yagobebwa obutadda ku ssomero olw'okutulugunya abalala." }, { "english": "Most people migrated because of wars in their homeland.", "luganda": "Abantu abasinga baasenguka olw'entalo mu bitundu gye bazaalwa." }, { "english": "The mob killed the thief.", "luganda": "Abatwalira amateeka mu ngalo basse omubbi." }, { "english": "He has just been confirmed dead.", "luganda": "Yakakakasibwa nti afudde." }, { "english": "The mob has been arrested for not respecting the law.", "luganda": "Abaatwalidde amateeka mu ngalo bakwatiddwa olw'obutassa kitiibwa mu mateeka." }, { "english": "The thief was killed in the morning.", "luganda": "Omubbi yattiddwa ku makya." }, { "english": "Journalists arrived at the scene late.", "luganda": "Bannamawulire baatuuka kikeerezi mu kifo awazziddwa omusango." }, { "english": "He died of drug abuse.", "luganda": "Yadde kukozesa biragalalagala." }, { "english": "His body was taken to hospital for postmortem.", "luganda": "Omulambo gwe gwatwaliddwa mu ddwaliro okwekebejjebwa." }, { "english": "We do not exactly know who killed the thief.", "luganda": "Tetumanyiddeeko ddala ani yatta omubbi." }, { "english": "They picked the body from the mortuary.", "luganda": "Omulambo baaguggya mu ggwanika." }, { "english": "The mob was very disorderly.", "luganda": "Abaatwalidde amateeka mu ngalo baabadde bakyankalamu nnyo." }, { "english": "The mob disorganized the entire event.", "luganda": "Abantu abaatwalidde amateeka mu ngalo baakyankalanyizza omukolo gwonna." }, { "english": "The angry mob attacked the police men.", "luganda": "Abeegugunzi balumbye omuserikale mu bukambwe." }, { "english": "One of the policemen shot someone.", "luganda": "Omu ku bapoliisi alina gwe yakubye essassi." }, { "english": "He has been given some treatment.", "luganda": "Aweereddwa ku bujjanjabi." }, { "english": "We are advised to report all criminals to police.", "luganda": "Tukubirizibwa okuloopa abazzi b'emisango bonna ku poliisi." }, { "english": "The police officers are still investigating the case.", "luganda": "Abapoliisi era bajja kunoonyereza ku musango." }, { "english": "The police official was kind enough to me.", "luganda": "Omukungu wa poliisi yali wa kisa nnyo gyendi." }, { "english": "The chairman has not yet given his remarks.", "luganda": "Ssentebe tannawa bubaka bwe." }, { "english": "A new chairperson will soon be elected.", "luganda": "Ssentebe omuggya ajja kulondebwa mu bwangu." }, { "english": "The outgoing chairman gave his speech.", "luganda": "Ssentebe avaako yawadde okwogera kwe." }, { "english": "I have not received any communication from the bursar.", "luganda": "Sinnafuna bubaka bwonna kuva ewa bbaasa." }, { "english": "The new committee members will swear in next month.", "luganda": "Ab'akakiiko akaggya bajja kulayira omwezi ogujja." }, { "english": "He won the presidential elections.", "luganda": "Yawangula okulonda kw'obwa pulezidenti." }, { "english": "He explained why we needed to have the elections soon.", "luganda": "Yannyonnyola lwaki twetaaga okulonda amangu." }, { "english": "He shared his accomplishments while he was in office.", "luganda": "Yayogera bye yakola ng'akyali mu woofiisi." }, { "english": "The community members really appreciated him.", "luganda": "Abantu b'ekitundu baamusiima nnyo." }, { "english": "People with disabilities were well represented.", "luganda": "Abantu abaliko obulemu bakiikiriddwa bulungi." }, { "english": "The priest was transferred to another region.", "luganda": "Omusumba yatwaliddwa mu kitundu ekirala." }, { "english": "The chairman was appreciated for his good service.", "luganda": "Ssentebe yasiimiddwa olw'empeereza ye ennungi." }, { "english": "She asked for clarification on the elections.", "luganda": "Yasabye okulambikibwa ku by'okulonda." }, { "english": "I was left speechless after the minister's communication.", "luganda": "Nasigadde nga sirina kya kwogera oluvannyuma lw'okwogera kwa minisita." }, { "english": "I learnt a lot during my term of office.", "luganda": "Nayiga bingi mu kisanja kyange nga ndi mu woofiisi." }, { "english": "He lost the elections last year.", "luganda": "Yawangulwa mu kalulu omwaka oguwedde." }, { "english": "He decided to contest again this year.", "luganda": "Yasazeewo addemu okuvuganya omwaka gunno." }, { "english": "They requested everyone to plant a tree in their compound.", "luganda": "Baasaba buli omu asimbe omuti mu mpya zaabwe." }, { "english": "Deforestation has great effects on climate.", "luganda": "Okusanyaawo ebibira kikosa nnyo embeera y'obudde." }, { "english": "They decided to invest in tree planting.", "luganda": "Baasalawo okusiga ensimbi mu kusimba emiti." }, { "english": "More people wish to buy shares in the company.", "luganda": "Abantu abalala baagala okugula emigabo mu kampuni." }, { "english": "Very many trees have been cut down recently.", "luganda": "Emiti mingi nnyo gitemeddwa gye buvuddeko." }, { "english": "He said that more land would be provided for tree planting.", "luganda": "Yagamba nti ettaka eddala lyandiweereddayo okusimba emiti." }, { "english": "We are all responsible for tree planting.", "luganda": "Ffenna tulina obuvunaanyizibwa okusimba emiti." }, { "english": "Tree planting can be a source of income.", "luganda": "Okusimba emiti kuyinza okuba ensibuko y'ensimbi." }, { "english": "People were advised to practice re-afforestation.", "luganda": "Abantu baaweereddwa amagezi okusimba emiti we gitemeddwa." }, { "english": "Most people cut down trees to get firewood.", "luganda": "Abantu abasinga batema emiti okufuna enku." }, { "english": "I don't know why my performance has deteriorated.", "luganda": "Simanyi lwaki enkola yange ekendedde." }, { "english": "The best performers were rewarded.", "luganda": "Abaasinga okukola baasiimibwa." }, { "english": "Many students are learning from home due to the pandemic.", "luganda": "Abayizi bangi basomera waka olw'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "The number of illiterates is alarming.", "luganda": "Omuwendo gw'abatamanyi kusoma na kuwandiika gwewuniikiriza." }, { "english": "Students are very poor at Mathematics.", "luganda": "Abayizi babi nnyo mu kubala." }, { "english": "All schools admitted more students this year.", "luganda": "Amasomero gonna gaayingizaa abaana bangi omwaka gunno." }, { "english": "Teachers should always guide their students.", "luganda": "Abasomesa balina bulijjo okulambika abayizi baabwe." }, { "english": "She has not attended lessons for the past one week.", "luganda": "Tasomye mu wiiki yonna eyise." }, { "english": "Most of the teachers were laid off.", "luganda": "Abasomesa abasinga baasalibwako." }, { "english": "Most students need special attention from their teachers in order to excel.", "luganda": "Abayizi abasinga beetaga okufiibwako ennyo abasomesa baabwe okusobola okuyita obulungi." }, { "english": "Teachers should always mind their behaviour while in classrooms.", "luganda": "Abasomesa balina okufa ku neeyisa zaabwe nga bali mu bibiina." }, { "english": "The whole class failed the examination.", "luganda": "Ekibiina akyonna kyagwa ekigezo." }, { "english": "The parents were wondering why their children had performed poorly.", "luganda": "Abazadde baabadde beewuunya lwaki abaana babwe baakoze bubi." }, { "english": "He is likely to lose the election.", "luganda": "Yandiwangulwa mu kalulu." }, { "english": "He has very many responsibilities.", "luganda": "Alina obuvunaanyizibwa bungi nnyo." }, { "english": "They requested for money to organise the event.", "luganda": "Baasaba ssente okutegeka omukolo." }, { "english": "The community was briefed about the constitution.", "luganda": "Abantu baategeezeddwa ku ssemateeka." }, { "english": "She was released from prison yesterday.", "luganda": "Yateereddwa okuva mu kkomera eggulo." }, { "english": "My brother accused me of eating his food.", "luganda": "Muganda wange yanvunaaanye okulya emmere ye." }, { "english": "They negotiated with the officer to forgive them.", "luganda": "Baateesa n'omukungu okubasonyiwa." }, { "english": "People are not informed about the nomination procedure.", "luganda": "Abantu teyagambibwa ku mitendera gy'okusunsula." }, { "english": "He has applied for a bank loan to start up a business.", "luganda": "Asabye okwewola ssente mu banka okutandikawo bizinensi." }, { "english": "The funds have taken long to be released.", "luganda": "Obuyambi buluddewo okufulumizibwa." }, { "english": "We have not seen the accountant in a long time.", "luganda": "Tetulabye ku mubazi wa bitabo okumala ebbanga gwanvu." }, { "english": "He admitted having rigged the votes.", "luganda": "Yakkiriza okubba obululu." }, { "english": "He was not welcomed into the community.", "luganda": "Teyayanirizibwa mu kitundu." }, { "english": "They complained about the bad governance.", "luganda": "Beemulugunya ku nfuga embi." }, { "english": "The magistrate declared him guilty of impersonation.", "luganda": "Omulamuzi ya kkooti ento yamugguddeko omusango ogw'okwefuula ky'atali." }, { "english": "He cleared the bank loan.", "luganda": "Yasasula ebbanja lya banka." }, { "english": "His salary has been tripled.", "luganda": "Omusala gwe gukubisiddwamu emirundi esatu." }, { "english": "A good number of women are picking interest in leadership.", "luganda": "Omuwendo gwa abakyala oguwe gufunye obwagazi mu byobukulembeze." }, { "english": "Women should be educated about the different opportunities specifically present for them.", "luganda": "Abakyala balina okusomesebwa ku mikisa egy'enjawulo na ddala gye balinawo." }, { "english": "The gender gap in Uganda is still big.", "luganda": "Omuwaatwa wakati w'ekikula gukyali munene." }, { "english": "Men still disrespect their wives.", "luganda": "Abasajja era tebakyawa bakyala baabwe kitiibwa." }, { "english": "Women should form organizations to empower themselves.", "luganda": "Abakyala balina okukola ebibiina basobole okwekulaakulanya." }, { "english": "Some girls are still denied the right to education.", "luganda": "Abawala abamu bakyammiddwa eddembe lyabwe okusoma." }, { "english": "Most leadership positions are occupied by men.", "luganda": "Ebifo by'obukulembeze ebisinga birimu basajja." }, { "english": "Men should support women in all aspects of life.", "luganda": "Abasajja balina okuyambako abakyala mu mbeera z'obulamu zonna." }, { "english": "We were told not to discriminate against one because of their gender.", "luganda": "Twagambibwa obutasosola muntu yenna olw'ekikula kyabwe." }, { "english": "Some men still think that women should only stay at home and cook food.", "luganda": "Abasajja abamu bakyalowooza nti abakyala balina kusigala waka kyokka bafumbe emmere." }, { "english": "A woman empowerment workshop is being organized.", "luganda": "Omusomo gw'okukulaakulanya abakyala gutegekebwa." }, { "english": "Different projects have been started to support the girl child.", "luganda": "Pulojekiti ez'enjawulo zitandikiddwawo okuyamba omwana omuwala." }, { "english": "The doctor told me to take my child for immunization.", "luganda": "Omusawo yangamba okutwala omwana wange okugemebwa." }, { "english": "All children will be immunized free of charge.", "luganda": "Abaana bonna bajja kugemebwa ku bwereere." }, { "english": "He was immunized at birth.", "luganda": "Yagemebwa nga yaakazaalibwa." }, { "english": "The hospitals lack enough polio vaccines.", "luganda": "Eddwaliro teririna ddagala ligema pooliyo limala." }, { "english": "The polio vaccines meant for the refugees were delayed.", "luganda": "Eddagala erigema pooliyo eryali lirina okuba ery'abanoonyiboobubudamu lyalwisibwawo." }, { "english": "Few people were vaccinated against polio.", "luganda": "Abantu batono abaagemebwa pooliyo." }, { "english": "The ministry of health has carried out vaccination to control the six killer diseases.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu egemye abantu okusobola okuziyiza endwadde omukaaga zi nnamutta." }, { "english": "The ministry aims at maintaining a healthy lifestyle among the people.", "luganda": "Minisiture eruubirira kukuuma bw'abantu nga bulungi." }, { "english": "Some parents resisted the vaccination of their children.", "luganda": "Abazadde abamu baagaana abaana baabwe okugemebwa." }, { "english": "People were not informed about the vaccination campaign.", "luganda": "Abantu tebaategeezebwa ku nteekateeka y'okugema." }, { "english": "Some people produced body rashes after taking the vaccines.", "luganda": "Abantu abamu baayiwa obutulututtu ku mibiri oluvannyuma lw'okugemebwa." }, { "english": "The district health workers extended health services to the people.", "luganda": "Abasawo ku disitulikiti baasembeza abantu obujjanjabi." }, { "english": "The health workers were committed to providing health services to the people.", "luganda": "Abasawo bali banyiikivu mu kuwa bantu obujjanjabi." }, { "english": "The youths engage in sex at a young age.", "luganda": "Abavubuka beenyigira mu bikolwa by'okwegatta ku myaka emito." }, { "english": "The district organised a meeting to address the challenge of early pregnancies.", "luganda": "Disitulikiti yategeka olukiiko okwogera ku bizibu ebiri mu kufuna embuto ng'abaana bakyali bato." }, { "english": "The district has established sexual reproductive health programs in the district.", "luganda": "Disitulikiti etaddewo pulogulaamu ezikwata ku by'okuzaala mu disitulikiti." }, { "english": "There is an increase in the maternal mortality rate in the district.", "luganda": "Omuwendo gw'abakyala abafiira mu ssanya gweyongedde mu disitulikiti." }, { "english": "The ministry of health has embarked on reducing the maternal mortality rates.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu essira eritadde ku kukendeeza ku muwendo gw'abakyala abafiira mu ssanya." }, { "english": "The hospitals lack qualified medical personnel to handle women in labour.", "luganda": "Amalwaliro tegalina basawo bakugu okukola ku bakyala abali mu leeba." }, { "english": "People have no access to family planning services.", "luganda": "Abantu tebalina busobozi bwa kufuna enkola za kizaalaggumba." }, { "english": "Sensitization on family planning will be added to Sexual reproductive health program.", "luganda": "Okuyigirizibwa ku by'okuzaala kujja kwanjulibwa okwongeza obuweereza bwa kizaalaggumba." }, { "english": "Sexual reproductive health will reduce the rate of gender-based violence.", "luganda": "Ebyobulamu ebikwata ku kuzaala bijja kumalawo obutabanguko obwesigamiziddwa ku kikula." }, { "english": "There is improper sanitation in schools.", "luganda": "Ebyobuyonjo mu ssomero si birungi." }, { "english": "The district has extended counselling services to the refugees.", "luganda": "Disitulikiti esembezza enkola y'okubudaabuda eri abanoonyiboobubudamu" }, { "english": "The district leaders advised the people to avoid alcoholism.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti baakubirizza abantu okwewala okunywa omwenge." }, { "english": "The district will extend the sexual reproductive health services to the people.", "luganda": "Disitulikiti ejja kutuusa ebyobulamu ebikwata ku kuzaala eri abantu." }, { "english": "People should organise themselves in groups to get loans from the government.", "luganda": "Abantu balina okwekolamu ebibiina okusobola okwewola ssente mu gavumenti." }, { "english": "The government has provided capital to people so that they participate in business activities.", "luganda": "Gavumenti ewadde abantu entandikwa basobole okwenyigira mu bizinensi." }, { "english": "People have been equipped with skills in carpentry and tailoring.", "luganda": "Abantu baweereddwa obukugu mu kubajja n'okutunga." }, { "english": "People lack the income to take their children to school.", "luganda": "Abantu tebalina ssente kutwala baana baabwe ku ssomero." }, { "english": "People lack the income to engage in business.", "luganda": "Abantu tebalina ssente kwenyigira mu bizinensi." }, { "english": "Parents educate their children.", "luganda": "Abazadde basomesa abaana baabwe." }, { "english": "The district encouraged the families to work hard to achieve socio-economic transformation.", "luganda": "Disitulikiti yakubirizza amaka okukola ennyo okusobola okukulaakulana mu byenfuna ne mw'ebyo ebibagattira awamu." }, { "english": "Families lack food and clothing.", "luganda": "Amaka tegalina mmere n'ebyokwambala." }, { "english": "People cannot access loans from banks.", "luganda": "Abantu tebasobola kwewola mu banka." }, { "english": "Women have assumed the responsibilities of providing for their families.", "luganda": "Abakyala batutte obuvunaanyizibwa bw'okulabirira amaka gaabwe." }, { "english": "Men were advised to stop the polygamous way of life.", "luganda": "Abasajja baaweereddwa anmagezi okukomya enkola y'okuwasa abakazi abangi." }, { "english": "Pupils have abandoned school for business activities.", "luganda": "Abaana basuddewo okusoma ne badda mu bizinensi." }, { "english": "Schools need education structures.", "luganda": "Amasomero geetaaga emitendera mu nzirukanya y'ebyenjigiriza." }, { "english": "Most of the pupils absent themselves on market days.", "luganda": "Abaana abasinga bayosa ku nnaku eziriko obutale." }, { "english": "There is a poor transport network in the area.", "luganda": "Ebyentambula embi mu kitundu." }, { "english": "Pupils are underperforming at school.", "luganda": "Abaana bakola bubi ku ssomero." }, { "english": "Children are not interested in education.", "luganda": "Abaana tebagala kusoma." }, { "english": "The poor attendance of the learners has affected the morale of the teachers.", "luganda": "Okwosaayosa kw'abayizi kukosezza omudigido gw'abasomesa kwe basomeseza." }, { "english": "Parents should encourage their children to study.", "luganda": "Abazadde balina okukubiriza abaana baabwe okusoma" }, { "english": "Primary schools are performing poorly in the primary leaving examinations.", "luganda": "Amasomero ga pulayimale gakola bubi mu bibuuzo bya pulayimale eby'akamalirizo." }, { "english": "Parents have a negative attitude towards education.", "luganda": "Abazadde balina endowooza embi eri okusoma." }, { "english": "Parents have introduced learners to small businesses which have diverted their attention from school.", "luganda": "Abazadde bayigirizza abaana bwabwe bu bizinensi obutonotono ekiwugudde ebirowoozo byabwe okuva ku kusoma." }, { "english": "Absenteeism of the pupils has encouraged poor performance.", "luganda": "Okwosaayosa bw'abaana kiviiriddeko okukola obubi." }, { "english": "Parents were fined five thousand shillings for not sending their children to school.", "luganda": "Abazadde baaweeseddwa engassi ya enkumi ttaano olw'obutasindika baana baabwe ku ssomero." }, { "english": "Schools have encouraged parents to send their children to school.", "luganda": "Amasomero gakubirizza abazadde okusindika abaana baabwe ku ssomero." }, { "english": "The district leaders should lobby more funds from the government.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti balina okusaka obulala okuva mu gavumenti." }, { "english": "The district has poor infrastructures.", "luganda": "Disitulikiti erina ebintu ebiyambira abantu awamu ebibi." }, { "english": "There is an improvement in the transport network in the district.", "luganda": "Waliwo okutumbula ebyentambula ya disitulikiti." }, { "english": "Roads have been constructed in Moyo town.", "luganda": "Enguudo zizimbiddwa mu disitulikiti y'e Moyo." }, { "english": "Moyo town council lacks funds to improve service delivery in the area.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya ekibuga ky'e Moyo tekirina buyambi kutumbula buweereza mu kitundu." }, { "english": "Moyo town lacks better education facilities.", "luganda": "Ekibuga ky'e Moyo tekirina byanjigiriza bulungi." }, { "english": "The district officials should enhance development within their areas.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti balina okwongera enkulaakulana mu bitundu byabwe." }, { "english": "The district leaders have the aim of achieving the municipality status.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti balina ekiruubirirwa ky'okutuuka ku ddaala lya munisipaali." }, { "english": "Moyo secondary school road was constructed.", "luganda": "Oluguudo lwa Moyo secondary school lwazimbiddwa." }, { "english": "The district officials will supervise and regulate road construction in the area.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti bajja kulondoola n'okwekenneenya enzimba y'oluguudo mu kitundu." }, { "english": "People pledged their support to the leaders in enhancing development.", "luganda": "Abantu baawa obyeyamo bwabwe eri abakulembeze okuwagira enkulaakulana." }, { "english": "People in the district lack enough food to eat.", "luganda": "Abantu mu disitulikiti tebalina mmere ya kulya emala." }, { "english": "The government has provided people with food to eliminate the cases of malnutrition.", "luganda": "Gavumenti ewadde abantu emmere okumalawo ensonga y'endya embi." }, { "english": "People have been affected by diseases like marasmus.", "luganda": "Abantu bakoseddwa endwadde nga okukonziba." }, { "english": "People have been advised to have a balanced diet.", "luganda": "Abantu bakubiriziddwa okulya emmere erimu ebiriisa byonna." }, { "english": "Parents were advised to feed their children well so that they stay healthy.", "luganda": "Abazadde baaweereddwa amagezi okuliisa obulungi abaana baabwe basobole okusigala nga balamu." }, { "english": "The district aims at reducing the cases of malnutrition in the area.", "luganda": "Disitulikiti eruubirira okukendeeza ku ndya embi mu kitundu." }, { "english": "Thirty-four per cent of the children have stunted growth.", "luganda": "Ebitundu asatu mu bina ku buli kikumi eby'abaana bakonzibye." }, { "english": "Mothers have poor feeding habits after delivering.", "luganda": "Bamaama balya bubi nga bamaze okuzaala." }, { "english": "People have been advised to engage in Agricultural activities.", "luganda": "Abantu bakubiriziddwa okwetaba mu byobulimi." }, { "english": "The government approved the district nutritional plan.", "luganda": "Gavumenti yayisizza enteekateeka ya disitulikiti y'ebyendya ennungi." }, { "english": "The nutritional plan will be implemented in a period of five years.", "luganda": "Enteekateeka y'ebyendya ennungi ejja kuteekebwa mu nkola mu bbanga lya myaka etaano." }, { "english": "Children divert school fees to gambling.", "luganda": "Abaana ebisale by'essomero babizza mu kuzannya zzaala." }, { "english": "Parents should personally make school fees payments.", "luganda": "Abazadde balina okwesasulira ebisale by'essomero." }, { "english": "Children do not pay school fees when they are given money.", "luganda": "Abaana tebasasula bisale bya ssomero bwe baweebwa ssente." }, { "english": "Students divert money for school fees in sports betting.", "luganda": "Abayizi ssente z'ebisale by'essomero bazizza mu kusiba ku mizannyo." }, { "english": "Students are addicted to sports betting and listening to music.", "luganda": "Abayizi baagala nnyo okusiba ku mizannyo n'okuwuliriza ennyimba." }, { "english": "Students do not turn up for school after losing school fees money in betting.", "luganda": "Abayizi tebaddamu kugenda ku ssomero nga bamaze okutwalibwako ssente z'ebisale by'essomero mu kusiba ku mizannyo." }, { "english": "Less than two hundred students turn up for school in the third term.", "luganda": "Abayizi abakka wansi w'ebikumi bibiri be badda ku ssomero mu kusoma olwokusatu." }, { "english": "The government should regulate the activities of betting companies in society.", "luganda": "Gavumenti erina okulondoola emirimu gya kampuni ezisiba ku mizannyo mu kitundu." }, { "english": "The law which restricts betting to people below eighteen years has not been enforced.", "luganda": "Etteeka erigaana abantu abakka wansi w'emyaka ekkumi n'omunaana okusiba ku mizannyo teriteekeddwa mu nkola." }, { "english": "Betting has encouraged theft among children.", "luganda": "Okusiba ku mizannyo kuleeseewo obubbi mu baana." }, { "english": "Parents should prohibit their children from betting activities.", "luganda": "Abazadde balina okugaana baana baabwe okusiba ku mizannyo." }, { "english": "Gamblers assert that betting is a source of income.", "luganda": "Abazannyi ba zzaala bagamba nti okusiba ku mizannyo nsibuko ya nsimbi." }, { "english": "Gamblers asserted that only the lucky ones earn from betting.", "luganda": "Abazannyi ba zzaala bagamba nti bokka bannamukisa be bafuna mu kusiba ku mizannyo." }, { "english": "The district passed a bye-law to ban gambling activities in the area.", "luganda": "Disitulikiti yazzeemu okuyisa etteeka okuwera okuzannya zzaala mu kitundu." }, { "english": "District officials should strategise and improve the performance of children in schools.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti balina okukola enteekateeka okutumbula enkola y'abaana mu masomero." }, { "english": "Parents lack the income to provide for the academic needs of their children.", "luganda": "Abazadde tebalina ssente kutuukiriza ebyetaago by'abaana baabwe mu kusoma." }, { "english": "Students performed poorly in the mock examinations.", "luganda": "Abayizi baakola bubi mu bibuuzo ebya mmooko." }, { "english": "The district education officer advised candidates to stay focused and register good performances.", "luganda": "Omukungu w'ebyenjigiriza ku disitulikiti yakubirizza abayizi mu bibiina eby'akamalirizo okufaayo ennyo basobole okukola obulungi." }, { "english": "Moyo and Obongi acquired only twelve first grades in the mock examinations.", "luganda": "Moyo ne Obongi zaafuna abayizi kkumi na babiri bokka mu ddaala erisooka mu bigezo bya mmooko." }, { "english": "Students have challenges of question interpretation because of poor English.", "luganda": "Abayizi balina okusoomoozebwa kw'okutaputa ebibuuzo olw'oluzungu olubi." }, { "english": "Teachers should equip learners with the knowledge to guide them in the final examinations.", "luganda": "Abasomesa bayina okuwa abayizi amagezi gabayambe mu bigezo by'akamalirizo." }, { "english": "Male candidates performed better than female candidates in mock examinations.", "luganda": "Abayizi abalenzi mu bibiina eby'akamalirizo baakoze bulungi okusinga abawala mu bigezo bya mmooko." }, { "english": "Teachers are not focused because of low pay.", "luganda": "Abasomesa tebafaayo olw'omusala omutono." }, { "english": "English was one of the poorly done subjects.", "luganda": "Oluzungu limu ku masomo agaakoleddwa obubi." }, { "english": "Tertiary institutions equip learners with practical skills.", "luganda": "Amatendekero g'eby'emikono agawa abayizi obukugu obw'omu mutwe." }, { "english": "Students perform poorly because they had a weak foundation in the primary section.", "luganda": "Abayizi bakola bubi kubanga bayina omusingi omubi ku pulayimale." }, { "english": "Parents have recognised the importance of education.", "luganda": "Abazadde bategedde omugaso gw'okusoma." }, { "english": "Coral reefs have discouraged fishing activities on the River Nile.", "luganda": "Obusozi bw'omuzira bulemesezza eby'envuba ku mugga Nile." }, { "english": "The weed on River Nile has made it difficult for fishers to catch fish.", "luganda": "Omuddo ku mugga Nile guzibuwalizza abavubi okukwata ebyenyanja." }, { "english": "Fishers lack funds to take their children to school.", "luganda": "Abavubi tebalina ssente kutwala baana baabwe ku ssomero." }, { "english": "My salary is too low to sustain me.", "luganda": "Omusaala gwange mutono nnyo okunnyimirizaawo." }, { "english": "He acquired another loan before clearing the previous one.", "luganda": "Yeewoze ssente endala nga tannasasula nkadde." }, { "english": "All drug abusers will be punished.", "luganda": "Abakozesa ebiragalalagala bonna bajja kubonerezebwa." }, { "english": "He ventured into fishery because it is profitable.", "luganda": "Yateeka ssente mu by'obuvubi kubanga balimu amagoba." }, { "english": "I earn a lot from the fishery.", "luganda": "Nfuna nnyo mu byennyanja." }, { "english": "Drug abuse is very unhealthy.", "luganda": "Okukozesa ebiragalalagala kibi nnyo." }, { "english": "Most people in my village practise mixed farming.", "luganda": "Abantu abasinga ku kyalo kyange balina n'okulunda." }, { "english": "Farmers are making losses.", "luganda": "Abalimi bali mu kufiirizibwa." }, { "english": "They were advised to venture into poultry.", "luganda": "Baakubirizibwa okuteeka ssente mu kulunda enkoko." }, { "english": "He earns a lot of money from selling eggs.", "luganda": "Afuna ssente nnyingi mu kutunda amagi." }, { "english": "All his chicken died of pneumonia.", "luganda": "Enkoko ze zonna zaafa kirwadde ky'amawuggwe." }, { "english": "Fishermen complained about the water hyacinth.", "luganda": "Abavubi beemulugunyizza ku kiddo ky'oku nnyanja." }, { "english": "The minister donated fishing nets to the fisherman.", "luganda": "Minisita yawadde abavubi obutimba obuvuba." }, { "english": "A new market was constructed in Kampala.", "luganda": "Akatale akapya kaazimbiddwa mu Kampala." }, { "english": "The number of market vendors has increased.", "luganda": "Omuwendo gw'abasubuzi mu katale gweyongende." }, { "english": "They decided to build a hospital instead of a school.", "luganda": "Baasalawo kuzimba ddwaliro mu kifo ky'essomero." }, { "english": "Most market vendors realize huge profits.", "luganda": "Abasubuzi mu katale bangi bafuna amagoba mangi." }, { "english": "All market vendors were requested to pay taxes.", "luganda": "Abasubuzi mu katale bonna baasabiddwa okuwa omusolo." }, { "english": "They requested the government to renovate the market.", "luganda": "Baasaba gavumenti eddaabiriza akatale." }, { "english": "The city is overpopulated.", "luganda": "Ekibuga kirimu abantu bangi." }, { "english": "The market will be renovated.", "luganda": "Akatale kajja kuddaabirizibwa." }, { "english": "Many youths have started selling foodstuffs.", "luganda": "Abavubuka bangi batandise okutunda emmere." }, { "english": "My father does not own any land.", "luganda": "Taata wange tayinaayo ettaka lyonna." }, { "english": "He sacrificed his land for market construction.", "luganda": "Yawaayo ettaka lye okuzimbako akatale." }, { "english": "The market is really organized.", "luganda": "Akatale kateeketeeke bulungi." }, { "english": "The town centre has been developed.", "luganda": "Ekibuga kikulaakulanyiziddwa." }, { "english": "The government-funded the construction of the market.", "luganda": "Gavumenti yavujjiridde okuzimba akatale." }, { "english": "The market owner told all the vendors to register with him.", "luganda": "Nannyini katale yagamba abasuubuzi okwewandiisa naye." }, { "english": "The market vendors have a savings group.", "luganda": "Abasuubuzi mu katale bayina ekibiina mwe batereka ssente." }, { "english": "The market has a leadership committee.", "luganda": "Akatale kalina akakiiko akakulembeze." }, { "english": "The hospital workers are very hard-working.", "luganda": "Abakozi b'eddwaliro bakola nnyo." }, { "english": "I am one of the founders of the hospital.", "luganda": "Ndi omu ku batandisi b'eddwaliro." }, { "english": "All health workers were urged to perform their duties.", "luganda": "Abasawo bonna baasabiddwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe." }, { "english": "The doctor was transferred to another hospital.", "luganda": "Omusawo yatwaliddwa ku ddwaliro eddala." }, { "english": "All patients were taken to the health centre.", "luganda": "Abalwadde bonna baatwaliddwa mu ddwaliro." }, { "english": "The health centre has a board of governors.", "luganda": "Eddwaliro lirina akakiiko akakulembeze." }, { "english": "The patient was requested to pay a consultation fee.", "luganda": "Omulwadde yasabiddwa okusasula ssente z'okwebuuza." }, { "english": "A new generator was acquired for the health centre.", "luganda": "Jjenereeta empya yafuniddwa ku lw'eddwaliro." }, { "english": "The health centre also acquired an ambulance.", "luganda": "Eddwaliro nalyo lyafunye emmotoka etambuza abalwadde." }, { "english": "The ambulance was stolen from the hospital parking yard.", "luganda": "Emmotoka etambuza abalwadde yabbiddwa mu luggya lw'eddwaliro." }, { "english": "The court ordered the police and the army to leave his house immediately.", "luganda": "Kkooti yalagidde poliisi n'amagye okuva mu maka ge amangu ddala." }, { "english": "The accounts department had a meeting today.", "luganda": "Ekitongole ekibalirizi kibadde n'olukiiko leero." }, { "english": "They informed the chairman about the event.", "luganda": "Baategeeza ssentebe ku mukolo." }, { "english": "There is a need to construct better roads in Uganda.", "luganda": "Waliwo obwetaavu bw'okuzimba enguudo ennungi mu Uganda." }, { "english": "My father gifted me a car.", "luganda": "Taata wange yantonedde emmotoka." }, { "english": "All presidential candidates were given vehicles.", "luganda": "Abeesimbyewo ku bwa pulezidenti bonna baaweebwa emmotoka." }, { "english": "He won a car last year.", "luganda": "Yawangula emmotoka omwaka oguwedde." }, { "english": "It is not safe to move into town at night.", "luganda": "Kya bulabe okutambula mu kibuga ekiro." }, { "english": "He needed a car to ease his campaigns.", "luganda": "Yali yeetaaga emmotoka okwanguya kakuyege we." }, { "english": "I do not know how to ride a motorcycle.", "luganda": "Simanyi kuvuga pikipiki." }, { "english": "He took his vehicle from repair.", "luganda": "Yatutte emmotoka ye okuddaabirizibwa." }, { "english": "The chairman requested us to register our cars.", "luganda": "Ssentebe yatusaba okuwandiisa emmotoka zaffe." }, { "english": "We are very unhappy with the new cabinet.", "luganda": "Tetuli basanyufu yadde n'akakiiko akapya." }, { "english": "We have not had any executive meetings since last month.", "luganda": "Tetunnabaayo na lukiiko lukulembeze lwonna okuva omwezi oguwedde." }, { "english": "We are organizing a by-election.", "luganda": "Tuli mu kuteekateeka kuddamu kulonda." }, { "english": "The elections will be conducted tomorrow.", "luganda": "Okulonda kujja kubaayo enkya." }, { "english": "They appointed new ministers this year.", "luganda": "Baalonda baminisita abaggya omwaka guno." }, { "english": "Some people were not happy with the new leaders.", "luganda": "Abantu abamu tebaali basanyufu n'abakulembeze abaggya." }, { "english": "The school recruited more non-teaching staff.", "luganda": "Essomero lyayingizza abakozi abayambi abalala." }, { "english": "Women are still unfairly represented in leadership positions.", "luganda": "Abakyala era tebannakiikirirwa bulungi mu bifo by'obukulembeze." }, { "english": "Girls were encouraged to take on leadership positions.", "luganda": "Abawala baakubiriziddwa okutwala ebifo by'obukulembeze." }, { "english": "Women always feel segregated.", "luganda": "Abakyala bulijjo bawulirwa nga basosolwa." }, { "english": "Women should be respected and supported.", "luganda": "Abakyala bayina okuweebwa ekitiibwa n'okuyambibwa." }, { "english": "Women were urged to believe in themselves.", "luganda": "Abakyala baakubiriziddwa okwekkiririzaamu." }, { "english": "The level of absenteeism in schools is so high.", "luganda": "Okuyosa mu masomero kuli waggulu nnyo." }, { "english": "People did not vote for me in the recently held elections.", "luganda": "Abantu tebannonze mu kulonda okwakaggwa." }, { "english": "The number of women engaging in politics is increasing.", "luganda": "Omuwendo gw'abakyala ebeetaba mu byobufuzi gweyongera." }, { "english": "The president encouraged us to work towards a common goal.", "luganda": "Pulezidenti yatukubirizza okukolerera okutuuka ku kiruubirirwa eky'awamu." }, { "english": "She was appointed to be the minister of health.", "luganda": "Yalondeddwa okuba minisita w'ebyobulamu." }, { "english": "She has gone to the hospital because she has a headache.", "luganda": "Agenze mu ddwaliro kubanga omutwe gumuluma." }, { "english": "There are many criminals at fishing sites.", "luganda": "Abazzi b'emisango bangi mu bifo ebivibirwamu." }, { "english": "He is a fresh graduate.", "luganda": "Yaakatikkirwa." }, { "english": "Her son has started fishing to get money.", "luganda": "Mutabani we atandise okuvuba okufuna ssente." }, { "english": "All fishermen were told to register at the district offices.", "luganda": "Abavubi bonna baagambidwa okwewandiisa ku woofiisi za disitulikiti." }, { "english": "Fishers were given fishing nets to enhance their work.", "luganda": "Abavubi baaweereddwa obutimba obuvuba okwongera amaanyi mu mulimu gwabwe." }, { "english": "Some people carry out fishing illegally.", "luganda": "Abantu abamu bavuba mu bumenyi bw'amateeka." }, { "english": "Fishers should be careful while fishing.", "luganda": "Abavubi bayina okubeera abeegendereza nga bavuba." }, { "english": "All people who fish illegally will be arrested.", "luganda": "Abantu bonna abavuba mu bumenyi bw'amateeka bajja kukwatibwa." }, { "english": "He was arrested for selling stolen fish.", "luganda": "Yakwatiddwa lwa kutunda ebyennyanja ebibbe." }, { "english": "He stole the fishermen's fishing nets.", "luganda": "Yabbeye obutimba obw'omuvubi obuvuba." }, { "english": "He was taken to court over theft.", "luganda": "Yatwaliddwa mu kkooti olw'obubbi." }, { "english": "The chairman advised us to report all suspected thieves to him.", "luganda": "Ssentebe yatukubirizza okumuloopera abantu bonna abateeberezebwa okuba ababbi." }, { "english": "The price of fish is so high these days.", "luganda": "Ebbeeyi y'ebyennyanja eri waggulu nnyo ennaku zino." }, { "english": "The community members asked their leader for the annual budget.", "luganda": "Abatuuze b'ekitundu baasabye omukulembeze waabwe embalirira y'omwaka." }, { "english": "He shared last year's budget with us.", "luganda": "Yagabana naffe embalirira y'omwaka oguwedde." }, { "english": "The budget was not clear enough for us.", "luganda": "Embalirira teyali nnambulukufu kimala gye tuli." }, { "english": "The budget has been forwarded to the ministry of finance.", "luganda": "Embalirira eweerezeddwa mu minisitule y'ebyensimbi." }, { "english": "They presented the budget during the parliamentary meeting.", "luganda": "Baayanjudde embalirira mu lutuula lwa paalamenti." }, { "english": "He requested us to apologize to the minister of finance.", "luganda": "Yatusabye okwetondera minisita w'ebyensimbi." }, { "english": "Many Ugandans earn very low salaries.", "luganda": "Bannayuganda bangi bafuna emisaala mitono." }, { "english": "Some people have not yet received their salary.", "luganda": "Abantu abamu tebannafuna musaala gwabwe." }, { "english": "Many people can not afford food.", "luganda": "Bantu bangi tebasobola kwetuusaako mmere." }, { "english": "The budget must be revised.", "luganda": "Embalirira erina okutunulwamu." }, { "english": "Everyone did not understand the document.", "luganda": "Buli omu teyategedde kiwandiiko." }, { "english": "He requested us to be transparent about the expenditures.", "luganda": "Yatusabye okubeera abeerufu mu nsaansaanya." }, { "english": "They struck over poor leadership.", "luganda": "Beekalakaasa olw'obukulembeze obubi." }, { "english": "New schools have been built in my village.", "luganda": "Amasomero amapya gazimbiddwa mu kyalo kyange." }, { "english": "The school got burnt last night.", "luganda": "Essomero lyayidde ekiro ekyayise." }, { "english": "People are fundraising to renovate the boy's dormitory.", "luganda": "Abantu basonda okuddaabiriza ekisulo ky'abalenzi." }, { "english": "Many children are bullied while in school.", "luganda": "Abayizi bangi batulugunyuzibwa nga bali mu ssomero." }, { "english": "She will be responsible for monitoring the purchase of that equipment.", "luganda": "Ajja kuvunaanyizibwa okulondoola engula y'ebintu." }, { "english": "The current political situation in the country is so annoying.", "luganda": "Embeera y'ebyobufuzi eriwo mu ggwanga enyiiza nnyo." }, { "english": "Currently we are raising funds to build the boys' dormitory.", "luganda": "Essaawa eno tusonda ssente okuzimba ebisulo by'abalenzi." }, { "english": "The local people took the matter into their hands and hired their own security guards.", "luganda": "Abatuuze beekozeemu omulimu ne beepangisiza abakuumi bwabwe." }, { "english": "The district lost millions of money in delayed infrastructure projects.", "luganda": "Disitulikiti yafiirwa obukadde bw'ensimbi mu pulojekiti z'okukola ebintu ebigasiza abantu awamu ebyalwawo." }, { "english": "The leader had a personal reason for involvement in that project.", "luganda": "Omukulembeze yabadde n'ensonga ye okwenyigira mu pulojekiti." }, { "english": "The woman representative urged the youth to stop involving themselves in riots.", "luganda": "Omubaka w'abakyala yasabye abavubuka okukomya okwenyigira mu bwegugungo." }, { "english": "Residents are disappointed because the newly constructed roads developed cracks.", "luganda": "Abatuuze bennyamivu olw'oluguudo olupya olwakazimbibwa olwazzeemu enjatika." }, { "english": "Various organizations have funded the construction of roads in that region.", "luganda": "Ebitongole eby'enjawulo bivujjiridde okuzimba enguudo mu kitundu ekyo." }, { "english": "Many regions in northern Uganda lack proper water facilities.", "luganda": "Ebitundu bingi mu bukiikakkono bwa Uganda tebiyina mazzi amalungi." }, { "english": "The residents contributed to the construction of the borehole in their village.", "luganda": "Abatuuze baawaddeyo mu kuzimba nnayikondo mu kyalo kyabwe." }, { "english": "They didn't use experienced personnel in that project.", "luganda": "Tebaakozesa bantu bakugu mu pulojekiti eyo." }, { "english": "The district needs more funds to complete the water drilling project.", "luganda": "Disitulikiti yeetaaga ensimbi endala okumaliriza pulojekiti y'okusima amazzi." }, { "english": "The funds allocated to the district were not enough for completing the project.", "luganda": "Ensimbi ezaaweebwa disitulikiti zaali tezimala okumaliriza pulojekiti." }, { "english": "A certain organization has pledged to complete the construction process.", "luganda": "Ekitongole ekimu kyeyamye okumaliriza okuzimba." }, { "english": "The project will not be completed on time.", "luganda": "Pulojekiti tejja kuggwa mu budde." }, { "english": "The district leader delegated his supervisory role to his subordinates.", "luganda": "Omukulembeze wa disitulikiti yawadde obuvunaanyizibwa bwe obw'okulondoola eri b'akulembera." }, { "english": "The road leading to the trading centre is in a very poor state.", "luganda": "Oluguudo erigenda mu kabuga liri mu mbeera mbi nnyo." }, { "english": "The district management has failed to make road changes to adapt to new conditions.", "luganda": "Akakiiko akafuzi aka disitulikiti kalemeddwa okukola ekyukakyuka mu nguudo okutuuka ku mbeera eriwo." }, { "english": "The heavy rains last night damaged the road.", "luganda": "Enkuba ennyingi ekiro ekyayise yayonoonye oluguudo." }, { "english": "The heavy rains have destroyed schools in the refugee camps.", "luganda": "Enkuba ennyingi eyonoonye amasomero mu nkambi z'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "Residents in our village are working together to maintain community roads.", "luganda": "Abatuuze mu kyalo kyaffe bakolera wamu okukuuma enguudo z'omu kitundu." }, { "english": "The region has only one ambulance which has served for twenty years.", "luganda": "Ekitundu kirina emmotoka etambuza abalwadde emu ekoze okumala emyaka abiri." }, { "english": "Floods have affected more than one hundred people in our village.", "luganda": "Amataba gakosezza abantu abasoba mu kikumi mu kyalo kyaffe." }, { "english": "They are threatening to demonstrate over bad roads.", "luganda": "Batiisatiisa okwekalakaasa olw'enguudo embi." }, { "english": "The district leader blocked the diversion of funds.", "luganda": "Omukulembeze wa disitulikiti yalemesezza okukozesa ensimbi ebintu ebirala." }, { "english": "The road will be a network link to different areas in the region.", "luganda": "Oluguudo lujja kuba oluwenda olugatta ebitundu eby'enjawulo mu kitundu." }, { "english": "The government is in discussions with an external company to complete road construction.", "luganda": "Gavumenti eri mu nteesaganya ne kampuni y'ebweru okumaliriza okuzimba oluguudo." }, { "english": "In our area people are finding it difficult to access life-saving facilities.", "luganda": "Mu kitundu kyaffe abantu bakaluubirizibwa okufuna ebintu ebyetaagisa mu bulamu." }, { "english": "Two officers have arrested a leader for defiling a thirteen-year-old girl.", "luganda": "Abapoliisi babiri bakutte omukulembeze olw'okusobya ku muwala w'emyaka ekumi n'esatu." }, { "english": "There is an increase of rape cases during the pandemic lockdown.", "luganda": "Emisango gy'okusobya ku baana gyeyongedde mu muggalo gw'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "The teacher is guilty of rape.", "luganda": "Omusomesa avunaanibwa gwa kusobya ku muntu." }, { "english": "The main hospital gives free medical examination to rape victims.", "luganda": "Eddwaliro eddene liwa obujjanjabi obw'obwereere erina abantu abasobezeddwako." }, { "english": "He was sentenced to five years in jail for defiling a fifteen-year-old girl.", "luganda": "Yasaliddwa emyaka etaano mu nkomyo olw'okusobya ku muwala w'emyaka ekkumi n'etaano." }, { "english": "Five boys were arrested for gang-raping a thirteen-year-old girl.", "luganda": "Abalenzi bataano baakwatiddwa olw'okusobya ku muwala ow'emyaka ekkumi n'esatu mu kibinja." }, { "english": "He used force to rape the young girl which injured her.", "luganda": "Yakozesa maanyi okusobya ku muwala ekyamukosa." }, { "english": "The tight jeans my friend was putting on save her from rape.", "luganda": "Jjiini ezikwata mukwano ggwange ze yali ayambadde zaamutaasa okusobezebwako." }, { "english": "A man strangled a woman and raped her.", "luganda": "Omusajja yavumbagira omukyala n'amusobyako." }, { "english": "He was too ashamed to tell everyone the truth.", "luganda": "Yaswala nnyo okubuulira buli omu amazima." }, { "english": "He was terminated for absenteeism from work.", "luganda": "Yasazibwamu ku mulimu olw'okwosa." }, { "english": "Some parents decide to settle rape and defilement cases outside court.", "luganda": "Abazadde abamu basalawo okumaliriza emisango gy'obuliisamaanyi ebbali wa kkooti." }, { "english": "A young girl was forced to marry an old man who impregnated her.", "luganda": "Omuwala omuto yakakiddwa okufumbirwa omusajja omukulu eyamufunisa olubuto." }, { "english": "Her parents forced her to change the statement and withdraw the rape case.", "luganda": "Bazadde be baamukaka okukyusa sitatimenti aggyeyo omusango gw'obuliisamaanyi." }, { "english": "There was an increase in sexual violence during the coronavirus pandemic in Uganda.", "luganda": "Waliwo okweyongera mu kukakibwa mu bikolwa by'okwegatta mu biseera by'ekirwadde ky'akawuka ka kolona mu Uganda." }, { "english": "So far there is an increase in defilement cases this year.", "luganda": "Kati waliwo okweyongera mu misango gy'obuliisamaanyi omwaka guno." }, { "english": "The government facilities in our village need maintenance.", "luganda": "Ebintu bya gavumenti mu kyalo kyaffe byetaaga kuddaabirizibwa." }, { "english": "A government officer misused funds intended to buy new beds in the main hospital.", "luganda": "Omukungu wa gavumenti yakozesa bubi ensimbi ezaali ez'okugula ebitanda ebipya mu ddwaliro eddene." }, { "english": "More than one thousand businesses and buildings were damaged during the riots.", "luganda": "Ebizinensi ezisukka mu lukumi n'ebizimbe byayonoonebwa mu bwegugungo." }, { "english": "A new boys dormitory is under construction.", "luganda": "Ekisulo ky'abalenzi ekipya kizimbibwa." }, { "english": "The district has got funds from different organizations to improve health facilities.", "luganda": "Disitulikiti efunnye obuyambi okuva mu bitongole eby'enjawulo okutumbula ebyobulamu." }, { "english": "The organizations help refugees settle into the new community.", "luganda": "Ebitongole biyamba abanoonyiboobubudamu okusenga mu kitundu ekipya." }, { "english": "The government should organise training programs for health workers.", "luganda": "Gavumenti eyina okuteekateka okutendekebwa kw'abasawo." }, { "english": "It took us five hours to reach the nearest health facility.", "luganda": "Kyatutwalira essaawa ttaano okutuuka ku ddwaliro eriri okumpi." }, { "english": "That region hosts the highest number of refugees.", "luganda": "Ekitundu kirimu omuwendo gw'abanoonyiboobubudamu ogusinga obungi." }, { "english": "Uganda is the largest refugee-hosting country in Africa.", "luganda": "Uganda lye ggwanga erisinga okujjamu abanoonyiboobubudamu mu Africa." }, { "english": "Local communities contribute to the welfare of the refugees.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu bayamba abanoonyiboobubudamu okubeera obulungi." }, { "english": "Most of the refugees in Uganda come from the neighbouring countries.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu abasinga mu Uganda bava mu nsi eziriraanyeewo." }, { "english": "Residents were happy when the government built a new hospital in their area.", "luganda": "Abatuuze baali basanyufu gavumenti bwe yazimba eddwaliro eppya mu kitundu kyabwe." }, { "english": "In our village early pregnancies escalated during the pandemic lockdown.", "luganda": "Mu kyalo kyaffe embuto zeeyongera mu kiseera ky'omuggalo gw'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "In refugee camps there is an increase in teenage pregnancies.", "luganda": "Waliwo okweyongera kw'embuto mu bavubuka mu mkambi z'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "Some young girls seek means of survival and they end up getting pregnant.", "luganda": "Abawala abato abamu banoonya engeri z'okwebeezaawo ne bamaliriza nga bafunye embuto." }, { "english": "Some of these young girls are forced into marriage.", "luganda": "Abamu ku bawala bano abato bakakibwa mu bufumbo." }, { "english": "Organizations are educating girls on the dangers of early pregnancies.", "luganda": "Ebitongole bisomesa abawala ku bubi obuli mu kufuna embuto nga bato." }, { "english": "School health clubs have been formed in schools.", "luganda": "Ebibiina by'ebyobulamu eby'amasomero bitandikiddwawo mu masomero." }, { "english": "Girls who are not in school are at a high risk of early pregnancy.", "luganda": "Abawala abatali mu ssomero bali mu katyabaga k'okufuna embuto amangu." }, { "english": "Parents are paid money outside the court to close rape cases.", "luganda": "Abazadde baweebwa ssente ebweru wa kkooti okuggalawo emisango gy'obuliisamaanyi." }, { "english": "Learners are urged to remain in school to have a bright future.", "luganda": "Abayizi bakubirizibwa okusigala mu ssomero okubeera n'ebiseera by'omu maaso ebitangaavu." }, { "english": "Girls in Uganda between the age of six to twelve have never attended school.", "luganda": "Abawala mu Uganda wakati w'emyaka mukaaga n'ekkumi n'ebiri tebagendangako ku ssomero." }, { "english": "Village leaders urged parents to support their children in education.", "luganda": "Abakulembeze b'ekyalo baakubirizza abazadde okuyamba abaana baabwe mu kusoma." }, { "english": "Peer pressures among girls cause some early pregnancies.", "luganda": "Okusikirizibwa emikwano mu bawala kiviirako abamu okufuna amangu embuto." }, { "english": "Some communities have banned nightclubs due to immoral acts.", "luganda": "Ebitundu ebimu biweze ebiduula by'ekiro olw'ebikola ebibi." }, { "english": "Land wrangles are very common in Uganda today.", "luganda": "Enkaayana z'ettaka nnyingi nnyo mu Uganda ennaku zino." }, { "english": "The Ugandan parliament created new districts.", "luganda": "Paalamenti ya Uganda etonzeewo zi disitulikiti empya." }, { "english": "The parliament has as well created new counties.", "luganda": "Palementi era etonzeewo amasaza amapya." }, { "english": "There are fights between the local leaders in our village.", "luganda": "Waliwo okulwanagana wakati w'abakulembeze mu kyalo kyaffe." }, { "english": "Her opponent falsely accused her.", "luganda": "Amuvugannya yamunenyezza mu bukyamu." }, { "english": "Through elections the community will choose a leader they want.", "luganda": "Okuyita mu kulonda abantu bajja kulonda omukulembeze gwe baagala." }, { "english": "She asked them to bring proof of the allegations towards her.", "luganda": "Yabasaba okuleeta obukakafu bw'ebimwogerebwako." }, { "english": "For now she is the woman leader of the two districts.", "luganda": "Mu kaseera kano ye mukulembeze w'abakyala mu disitulikiti ebbiri." }, { "english": "People in our region should always live together as one.", "luganda": "Abantu mu kitundu kyaffe balina okubeera obumu." }, { "english": "For a region to have economic growth there must be cooperation among the residents.", "luganda": "Ekitundu okukulaakulana mu by'enfuna walina okubaawo enkolagana mu batuuze." }, { "english": "Leaders should have compassion among themselves and the people they lead.", "luganda": "Abakulembeze bayina okubeera ab'ekisa mu bo n'abantu be bakulembera." }, { "english": "The woman leader encouraged us to work together for the greater cause.", "luganda": "Omukulembeze w'abakyala yatukubirizza okukolera awamu olw'ekiruubirirwa ekinene." }, { "english": "Students should get knowledge about sexual education.", "luganda": "Abayizi bayina okufuna obubaka ku by'okwegatta." }, { "english": "There is a high rate of dropouts in our schools today.", "luganda": "Okuwanduka mu ssomero kuli waggulu nnyo mu masomero gaffe leero." }, { "english": "Poverty is one of the leading causes of school dropouts in Uganda.", "luganda": "Obwavu kye kimu ku bisinga okuviirako okuwanduka mu ssomero mu Uganda." }, { "english": "We should always encourage children to remain in school.", "luganda": "Tuyina okukubirizanga abaana basigale mu ssomero." }, { "english": "There is a bias against girls education in Africa.", "luganda": "Waliwo obutajjumbira mu kusoma kw'abawala mu Africa." }, { "english": "The organization educates children about abstinence and sexually transmitted diseases.", "luganda": "Ekitongole kisimesa abaana ku kwewala n'endwadde eziyita mu kwegatta." }, { "english": "Some girls fear to open up to parents about their sexual life.", "luganda": "Abawala abamu batya okweyabisa abazadde ku bulamu bwabwe obw'okwegatta." }, { "english": "A teacher lured a girl into sex promising to buy her scholastic materials.", "luganda": "Omusomesa yasenzesenze omuwala mu kikolwa ky'okwegatta ng'amusubizza okumugulira ebikozesebwa mu ssomero." }, { "english": "Can we reduce violence among young children?", "luganda": "Tusobola okukeendeza obutabanguko mu baana abato?" }, { "english": "I will help my daughter to achieve her dreams.", "luganda": "Nja kuyamba muwala wange okutuukiriza ebirooto bye." }, { "english": "At school the senior woman taught us how to lay our beds.", "luganda": "Ku ssomero omukyala avunaanyizibwa ku bawala yatusomesa bwe baala obuliri." }, { "english": "There are some words teachers should never say to their students.", "luganda": "Waliwo ebigambo ebimu abasomesa bye batalina kugamba bayizi baabwe." }, { "english": "Senior woman in school helps girls to overcome challenges caused by menstruation.", "luganda": "Omukyala avunaanyizibwa ku bawala mu ssomero ayamba abawala okuvvunuka ebisoomooza ebireetebwa ensonga z'ekikyala." }, { "english": "Parents marry off their young daughters in exchange for bride price.", "luganda": "Abazadde bafumbiza bawala baabwe abato ne babafunamu ebintu." }, { "english": "School health programs have helped to protect adolescents in schools.", "luganda": "Pulogula z'amasomero ez'ebyobulamu ziyambye okutangira abaana abavubuka mu masomero." }, { "english": "Waste management is one of the environmental problems faced in Kampala today.", "luganda": "Enkwata ya kasasiro kye kimu ku bizibu by'obutonde ebiri mu Kampala leero." }, { "english": "Garbage is collected from our homes every week at an agreed fee.", "luganda": "Kasasiro akungaanyizibwa okuva mu maka gaffe buli wiiki ku muwendo ogukaanyiziddaawo." }, { "english": "An organized town must have a spacious garbage collection center.", "luganda": "Ekibuga ekiteeeketeke kiyina okuba n'ekifo ewakungaanyizibwa kasasiro." }, { "english": "The district health officer warned residents against poor waste disposal.", "luganda": "Omukungu w'ebyobulamu ku disitulikiti yalabudde abatuuze ku nkwata ya kasasiro embi." }, { "english": "Local council leaders have suggested a day for weekly general cleaning.", "luganda": "Abakulembeze b'ekitundu bateesezza olunaku lwa bulungibwansi buli wiiki." }, { "english": "The council has set up rubbish pits in all centers to maintain cleanliness.", "luganda": "Akakiiko kataddewo awateekebwa kasasiro mu bitundu byonna okukuuma obuyonjo." }, { "english": "The council hired private trucks to speed up the garbage collection process.", "luganda": "Akakiiko kaapangisizza loore ez'obwannannyini okwanguya enkungaanya ya kasasiro." }, { "english": "Some council officers take advantage of situations for personal gains.", "luganda": "Abakungu b'akakiiko abamu bakozesa embeera ng'omukisa okufuniramu nga bo." }, { "english": "Residents blamed the town councilor for delaying to collect garbage.", "luganda": "Abatuuze baanenyezza kansala w'ekibuga olw'okulwawo okukungaanya kasasiro." }, { "english": "The council officers punished people who throw garbage in road trenches.", "luganda": "Abakungu b'akakiiko baakangavuudde abantu abasuula kasasiro mu myala gy'oku nguudo." }, { "english": "Market officers are directly in control of everything including garbage collection.", "luganda": "Abakungu b'akatale bavunaanyizibwa butereevu ku buli kintu omuli n'okukungaanya kasasiro." }, { "english": "Entebbe is one of the cleanest towns in the country.", "luganda": "Entebbe kye kimu ku bibuga ebisinga obuyonjo mu ggwanga." }, { "english": "The inter religious council is the body that unites all religious leaders in Uganda.", "luganda": "Omukago ogutaba enzikiriza ke kakiiko akataba abakulembeze b'enzikiriza bonna mu Uganda." }, { "english": "A Muslim has to make a holy pilgrimage to Mecca to be called Hajji.", "luganda": "Omusiraamu ayina okulamaga olugendo olutukuvu e Mecca okuyitibwa Hajji." }, { "english": "The Muslims fasting period is called Ramadan.", "luganda": "Ekisiibo ky'abasiraamu kiyitibwa Ramadan." }, { "english": "Ibrahim is the father of all believers in religious history.", "luganda": "Ibrahim ye taata w'abakkiriza bonna mu byafaayo by'eddiini." }, { "english": "All Moslem families have to slaughter an animal on this day.", "luganda": "Amaka g'abasiraamu gonna gayina okusala ekisolo ku lunaku luno." }, { "english": "The government donates animals and rice to Moslems across the country.", "luganda": "Gavumenti egaba ebisolo n'omuceere eri abasiraamu okwetooloola eggwanga." }, { "english": "Moslem men are allowed to marry more than one wife.", "luganda": "Abasajja abasiraamu bakkirizibwa okuwasa omukyala asukka mu omu." }, { "english": "Disunity yields no good in people's lives.", "luganda": "Enjawukana teziriimu kalungi konna mu bulamu bw'abantu." }, { "english": "We are all one in God's image.", "luganda": "Ffena tuli omu mu kifananyi kya Katonda." }, { "english": "There is a good relationship with Uganda and other countries.", "luganda": "Waliwo enkolagana ennungi wakati wa Uganda n'ensi endala." }, { "english": "It is a religious norm for Muslims to share meat on Eid.", "luganda": "Kalombolombo ka ddiini eri abasiraamu okugabana ennyama ku Eid." }, { "english": "Eid is celebrated every year.", "luganda": "Eid ekuzibwa buli mwaka." }, { "english": "It is good to love one another.", "luganda": "Kirungi okwagalana." }, { "english": "He donated food stuff to the elderly and disabled people.", "luganda": "Yawadde abakadde n'abaliko obulemu emmere." }, { "english": "On this day Moslems share whatever little they have with each other.", "luganda": "Ku lunaku luno abasiraamu bagabana akatono konns ke balina n'abalala." }, { "english": "Politics have led to rivalry between the two regions.", "luganda": "Ebyobufuzi bireesewo embiranye wakati w'ebitundu ebibiri." }, { "english": "The district committee planned on expanding the central market.", "luganda": "Akakiiko ka disitulikiti kaateesezza ku kugaziya akatale k'omu masekkati." }, { "english": "There is an increase in the number of people flocking in the capital city.", "luganda": "Waliwo okweyongera mu muwendo gw'abantu abeeyiwa mu kibuga ekikulu." }, { "english": "This land is viable for farming.", "luganda": "Ettaka ddungi okulima ko." }, { "english": "A rich man in our town donated the land for construction of the barracks.", "luganda": "Omusajja omugagga mu kibuga kyaffe yawaddeyo ettaka okuzimba ko enkambi z'amagye." }, { "english": "I connected with my customers to attract more business opportunities.", "luganda": "Nakwataganye n'abaguzi bange kufuna emirimu gy'obusuubuzi emirala." }, { "english": "Infrastructural developments have led to the economic growth of our town.", "luganda": "Okukulaakulanya ebintu ebiyambira abantu awamu kireeseewo okukulaakulana mu byenfuna mu kibuga kyaffe." }, { "english": "More people leave villages and farms to live in the cities.", "luganda": "Abantu abasinga baleka ebyalo ne ffaamu okubeera mu bibuga." }, { "english": "Various areas have been found suitable for the relocation.", "luganda": "Ebitundu bingi bisangiddwa nga birungi okusenzebwamu abantu." }, { "english": "They were relocated to a more spacious land.", "luganda": "Baasenzeddwa mu ttaka erisingako obunene." }, { "english": "There is a new police post in our trading center.", "luganda": "Waliwo ekitebe kya poliisi ekipya mu kabuga kaffe." }, { "english": "The relocation is expected to take about four months.", "luganda": "Okusengulwa abantu okubazza mu kifo ekirala kusuubirwa okutwala emyezi nga ena." }, { "english": "The procedure for relocating the barracks is too long.", "luganda": "Emitendera gy'okusengula enkambi y'amagye miwanvu nnyo." }, { "english": "There is a misunderstanding between the two refugee hosting districts.", "luganda": "Waliwo obutategeeregana wakati wa disitulikiti ebbiri ezisenza abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "There will be economic instability in the region.", "luganda": "Wajja kubaawo okutabanguka mu byenfuna mu kitundu." }, { "english": "Nowadays people take the law in their own hands.", "luganda": "Ennaku zino abantu batwalira amateeka mu ngalo." }, { "english": "Supporters of different opposition parties are fighting each other.", "luganda": "Abawagizi b'ebibiina eby'enjawulo ebivuganya balwanagana." }, { "english": "There is an increase in mob justice in our town.", "luganda": "Waliwo okweyongera mu kutwalira amateeka mu ngalo mu kibuga kyaffe." }, { "english": "The police are investigating the cause of the matter.", "luganda": "Poliisi enoonyereza ku kyavuddeko ensonga." }, { "english": "Some leaders are selfish and they only think about satisfying their pockets.", "luganda": "Abakulembeze abamu beeyagaliza bokka era balowooza ku kukkusa nsawo zaabwe." }, { "english": "The victims of mob justice received treatment from the region's main hospital.", "luganda": "Abakoseddwa mu kutwalira amateeka mu ngalo baafunye obujjanjabi okuva mu ddwaliro ly'ekitundu eddene." }, { "english": "Our region has one ambulance which can't cater for all the emergencies.", "luganda": "Ekitundu kyaffe kiyina emmotoka etambuza abalwadde emu etasobola kukola ku mbeeza za katyabaga zonna." }, { "english": "The two leaders had their personal misunderstandings.", "luganda": "Abakulembeze ababiri baalina obutakwatagana bwabwe." }, { "english": "Leaders should always work hand in hand with each other.", "luganda": "Abakulembeze bayina okukolagana." }, { "english": "The district hosts the highest number of refugees.", "luganda": "Disitulikiti erimu omuwendo gw'abanoonyiboobubudamu ogusinga obungi." }, { "english": "There will be a reconciliation meeting tomorrow at the district headquarters.", "luganda": "Wajja kubaawo olukiiko lw'okutabagana enkya ku kitebe kya disitulikiti ekikulu." }, { "english": "He will contest for the post of member of parliament in the upcoming elections.", "luganda": "Ajja kuvuganya ku kifo ky'omubaka wa paalamenti mu kulonda okujja." }, { "english": "My life is at a risk.", "luganda": "Obulamu bwange buli mu katyabaga." }, { "english": "These are false accusations from the opposition leader.", "luganda": "Waliwo ebimusibwako ebitali bituufu okuva eri amuvuganya." }, { "english": "The minister didn't receive the invitation.", "luganda": "Minisita teyafuna kuyitibwa." }, { "english": "He requested the government to increase funds allocated to refugee hosting districts.", "luganda": "Yasabye gavumenti okwongeza ku buyambi bw'eziweebwa disitulikiti ezisenza abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "There is an increase in poverty due to the Coronavirus pandemic.", "luganda": "Waliwo okweyongera mu bwavu olw'ekirwadde bbunansi eky'akawuka ka kolona." }, { "english": "Who is to blame for the accidents caused by bad roads?", "luganda": "Ani ow'okuvunaana ku bubenje obuva ku nguudo embi?" }, { "english": "It's ten years now since they last worked on the road.", "luganda": "Kati giweze myaka kkumi okuva oluguudo lwe lwako okukolebwa." }, { "english": "The company has acquired new machines for road construction.", "luganda": "Kampuni efunye ebyuma ebipya eby'okuzimba oluguudo." }, { "english": "Through our leaders we complained about the bad infrastructures in our town.", "luganda": "Nga tuyina mu bakulembeze baffe twemulugunyizza ku mbeera y'ebintu ebitugasiza awamu embi." }, { "english": "The road leads to the town trading centre and is used by many traders.", "luganda": "Oluguudo lugenda mu kabuga era likozesebwa abasuubuzi bangi." }, { "english": "The roads have many potholes which would cause a serious accident.", "luganda": "Enkubo lirimu ebinya bingi ebiyinza okuviirako obubenje obw'amaanyi." }, { "english": "He tried to avoid a pothole and he knocked a man on a motorcycle.", "luganda": "Yagezaako okwewala ekinnya n'akoona omusajja ku pikipiki." }, { "english": "The leaders are to blame for the diversion of funds meant for the project.", "luganda": "Abakulembeze be bayina okuvunaanyizibwa olw'okuzza ssente za pulojekiti mu bintu ebirala." }, { "english": "The woman leader is leading a demonstration against the poor roads in their town.", "luganda": "Omukulembeze w'abakyala akulembeddemu okwekalakaasa olw'enguudo embi mu kibuga kyabwe." }, { "english": "The bad roads cause accidents every day.", "luganda": "Enguudo amabi zireeta obubenje buli lunaku." }, { "english": "We cannot be slaves in our own country.", "luganda": "Tetusobola kuba baddu mu ggwanga lyaffe." }, { "english": "Maintenance of the roads will begin next month.", "luganda": "Okuddaabiriza enguudo kujja kutandika omwezi ogujja." }, { "english": "When working on a project one should consider the turnaround time.", "luganda": "Ng'okola ku pulojekiti omuntu alina okufaayo ku budde bwayo." }, { "english": "The minister blamed the contractors for the poor quality machines used in the construction.", "luganda": "Minisita yanenya abaweebwa omulimu olw'okukozesa ebyuma ebibi mu kuzimba." }, { "english": "The leader led the sit down strike in the town center.", "luganda": "Omukulembeze yakulembera okwekalakasa kw'okugaana okukola mu kabuga." }, { "english": "People were shouting and fighting each other.", "luganda": "Abantu baleekaana n'okulwanagana." }, { "english": "He claimed that the youths from the opposition side led the violence.", "luganda": "Yalumirizza nti abavubuka okuva ku ludda oluvuganya be baakulembeddemu akatanguko." }, { "english": "The leader had prepared a donation for a Womens' group.", "luganda": "Omukulembeze yali ategese ekirabo ky'ekibiina ky'abakyala." }, { "english": "The group of rioters claimed to be sent by the opposition leaders.", "luganda": "Ekibinja ky'abeekalakaasi kyalumirizza nti kyasindikiddwa abakulembeze b'oludda oluvuganya." }, { "english": "A lot of goods and buildings were destroyed during the rioting.", "luganda": "Ebyamaguzi n'ebizimbe bingi byayonooneddwa mu kwekalakaasa." }, { "english": "Violent youths burnt down a truck with electricity poles.", "luganda": "Abavubuka ab'effujjo baayokya loore eyaliko ebikondo by'amasannyalaze." }, { "english": "Five youths were arrested and detained.", "luganda": "Abavubuka bataano baakwatiddwa ne baggalirwa." }, { "english": "The angry youth looted goods from people's shops.", "luganda": "Abavubuka abasunguwavu babbye ebyamaguzi mu maduuka g'abantu." }, { "english": "The opposition leaders denied the allegations of enticing the youth into violence.", "luganda": "Abakulembeze ab'oludda oluvuganya beegaanye ebigambikwa nti baasenzesenze abavubuka mu kwegugunga." }, { "english": "He was arrested for leading the strike.", "luganda": "Yakwatiddwa lwa kukulemberamu okwekalakaasa." }, { "english": "The leader denied all the allegations.", "luganda": "Omukulembeze yeegaanye ebyogererebwa byonna." }, { "english": "During the riot the village chairperson was accidentally shot dead.", "luganda": "Mu keegugungo ssentebe w'ekyalo yakubiddwa essasi mu butanwa n'afa." }, { "english": "I can't believe even my sister can go against me.", "luganda": "Sisobola kukkiriza nti ne mwannyinaze asobola okunvaamu." }, { "english": "The police were aware of the plot by the youth to riot.", "luganda": "Poliisi yali emanyi ku lukwe lw'abavubuka okwekalakaasa." }, { "english": "Eighteen youths were arrested for leading the violence.", "luganda": "Abavubuka kkumi na munaana baakwatiddwa olw'okukulemberamu akatabanguko." }, { "english": "The affected town during the riot hosts the biggest number of refugees.", "luganda": "Ebibuga ebyakosebwa mu kwegugunga kirimu omuwendo gw'abanoonyiboobubudamu ogusinga obunene." }, { "english": "The riots began when the opposition leader was out of the town.", "luganda": "Okwegugunga kwatandika ng'omukulembeze w'oludda oluvuganya gavumenti tali mu kibuga." }, { "english": "The leader was fighting for the rights of the people in that city.", "luganda": "Omukulembeze yali alwanirira eddembe ly'abantu mu kibuga." }, { "english": "There is no space in the market to accommodate all the vendors.", "luganda": "Tewaliwo kifo mu katale okubeeramu abasuubuzi bonna." }, { "english": "The officers confiscate their merchandise and it's not returned to them.", "luganda": "Abakungu baawamba ebyamaguzi byabwe naye tebibaddizibwa." }, { "english": "On Sunday toilets are locked and vendors are forced to defecate in the open.", "luganda": "Ku lwesande kaabuyonjo zibeera nzigale abasuubuzi ne bapama mu kyangaala." }, { "english": "The city has allocated vending sites outside the town but they rejected it.", "luganda": "Ekibuga kitaddewo ekifo ky'abasuubuzi wabweru w'ekibuga naye baakigaana." }, { "english": "The city enforcement team impounds goods from vendors.", "luganda": "Ttiimu eddukanya emirimu gy'ekibuga yaboye ebyamaguzi okuva ku basuubuzi." }, { "english": "It is unfair to evict street vendors they don't have where to operate from.", "luganda": "Si kya bwenkanya okuggya abasuubuzi ku nguudo tebayina waakukolera." }, { "english": "Selling goods on the streets is the only way they can facilitate their families.", "luganda": "Okutundira ebyamaguzi ku nguudo y'engeri yokka gye basobola okuyimirizaawo amaka gaabwe." }, { "english": "Vendors on the streets are ready to move to the new market.", "luganda": "Abasuubuzi ku nguudo beetegefu okugenda mu katale akapya." }, { "english": "The city authority took operations against street vendors operating illegally.", "luganda": "Ekitongole ekiddukanya ekibuga kyakoze ekikwekweto ku basuubuzi bw'okunguudo abakolerako mu bumenyi bw'amateeka." }, { "english": "Poor planning of the city can lead to limited space for business.", "luganda": "Okuteekerateekera obubi ekibuga kiyinza okuviirako okubulwa ebifo awakolelwa bizinensi." }, { "english": "A good leader should be exemplary in his administrative work.", "luganda": "Omukulembeze omulungi ayina okubeera ekyokulabirako mu mirimu gye egy'obukulembeze." }, { "english": "The market vendors in our town formed a saving group last month.", "luganda": "Abasuubuzi b'omu katale mu kibuga kyaffe baakola ekibiina ky'okutereka ensimbi omwezi oguwedde." }, { "english": "One of the things that facilitate development of a place is good security.", "luganda": "Ekimu ku bintu ekitumbula enkulaakulana y'ekifo bwe bukuumi obulungi." }, { "english": "The swearing in ceremony of the new district chairman happened yesterday.", "luganda": "Omukolo gw'okulayira kwa ssentebe wa disitulikiti omuggya gwabaddewo eggulo." }, { "english": "Among the major challenges of the district is the poor health services.", "luganda": "Ebimu ku bisoomooza ennyo disitulikiti bye byobulamu ebibi." }, { "english": "One of the leaders of our town was in office for twenty years.", "luganda": "Omu ku bakulembeze b'ekibuga kyaffe yali mu woofiisi okumala emyaka abiri." }, { "english": "A man cuts his neighbor's hand after quarreling over their land boundaries.", "luganda": "Omusajja asala omukono gwa muliraanwa we oluvannyuma lw'okuyombera ensalosalo z'ettaka." }, { "english": "Possession of guns without government permission is against the law.", "luganda": "Okubeera n'emmundu nga toyina lukusa lwa gavumenti kimenya mateeka." }, { "english": "The leaders signed a peace agreement to end bloodshed among their people.", "luganda": "Abakulembeze bassa emikono ku ndagaano y'emirembe okukomya ekiyiwamusaayi mu bantu baabwe." }, { "english": "Police arrested a group of youths who attacked their fellows in their neighborhood.", "luganda": "Poliisi yakwata ekibinja ky'abavubuka abaalumba bannaabwe ku muliraano." }, { "english": "Residents attacked a rich man who attempted to grab part of their land.", "luganda": "Abatuuze balumbye omusajja omugagga eyagezaako okubba ekitundu ku ttaka lyabwe." }, { "english": "Countries with poor leadership lag behind in development.", "luganda": "Ensi ezirina obukulembeze obubi zibeera mabega mu nkulaakulana." }, { "english": "The minister of local government announced new cities this year.", "luganda": "Minisita wa gavumenti z'ebitundu yalangirira ebibuga ebipya omwaka guno." }, { "english": "A good working relationship yields positive results in the community.", "luganda": "Enkolagana ennungi evaamu ebintu ebirungi mu kitundu." }, { "english": "Our village chairman is fair to all residents in the community.", "luganda": "Ssentebe w'ekyalo kyaffe mwenkanya eri abatuuze bonna mu kitundu." }, { "english": "The national anthem reminds Ugandans to stay united at all times.", "luganda": "Oluyimba lw'eggwanga lujjukiza bannayuganda okubeera ekimu ebiseera byonna." }, { "english": "The district committee organised a farewell party for the chairman.", "luganda": "Akakiiko ka disitulikiti kaategese akabaga akasiibula ssentebe." }, { "english": "The minister for health was the chief guest at the function.", "luganda": "Minisita w'ebyobulamu ye yali omugenyi omukulu ku mukolo." }, { "english": "A few years back Ebola killed many people in northern Uganda.", "luganda": "Myaka mitono emabega Ebola yatta abantu bangi mu bukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "I heard people saying that Ebola is spread by monkeys.", "luganda": "Nawulira abantu abagamba nti Ebola asaasaanyizibwa nkima." }, { "english": "This disease spreads so easily from one person to another.", "luganda": "Obulwadde buno busaasaana mangu okuva ku muntu omu okudda ku mulala." }, { "english": "Some Ugandan soldiers came back from Congo with the disease.", "luganda": "Abajjaasi ba Uganda abamu baakomawo okuva e Congo n'ekirwadde." }, { "english": "People who died of Ebola were buried by specific people appointed by the government.", "luganda": "Abantu abaafa Ebola baaziikibwa abantu ab'enjawulo abaalondebwa gavumenti." }, { "english": "Lacor hospital in Gulu did a commendable job in treating Ebola patients.", "luganda": "Eddwaliro lya Lacor mu Gulu lyakola omulimu ogw'ettendo mu kujjanjaba abalwadde ba Ebola." }, { "english": "The ministry organizes workshops aimed at improving health workers' performance.", "luganda": "Minisitule etegeka emisomo egigendererwamu okutumbula ku nkola y'abasawo." }, { "english": "Some diseases need people to be very careful to survive them.", "luganda": "Eddwadde ezimu zeetaga abantu okubeera abeegendereza ennyo okuzisimattuka." }, { "english": "The number of people who have tested positive for tuberculosis is scaring.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu abazuuliddwamu obulwadde bw'akafuba gutiisa." }, { "english": "Signs and symptoms of some diseases confuse patients.", "luganda": "Obubonero bw'endwadde ezimu butabula abalwadde." }, { "english": "Some people confuse medical illnesses with witchcraft.", "luganda": "Abantu abamu babuzaabuzibwa obulwadde bw'ekizungu n'eddogo." }, { "english": "Health workers must attend to patients with proper protective gears.", "luganda": "Abasawo bayina okukola ku balwadde n'ebintu ebibatangira obulungi." }, { "english": "People should observe personal hygiene at all times to be healthy.", "luganda": "Abantu bayina okukuuma nga bayonjo obudde bwonna okuba abalamu." }, { "english": "Our school performed poorly in the national examinations last year.", "luganda": "Essomero lyaffe lyakola bubi mu bigezo by'eggwanga lyonna eby'akamalirizo omwaka oguwedde." }, { "english": "Some students fail exams because of poor teaching methods.", "luganda": "Abayizi abamu bagwa ebigezo olw'obukodyo by'okusomesamu obubi." }, { "english": "Student strikes lead to destruction of schools' properties", "luganda": "Okwekalakaasa kw'abayizi kuleetera okwenoona kw'ebintu by'essomero." }, { "english": "The new head teacher in our government school has improved students' morals.", "luganda": "Omukulu w'essomero lyaffe erya gavumenti omuggya atumbudde empisa z'abayizi." }, { "english": "Parents are advised to look through their children`s work on visitation days.", "luganda": "Abazadde bakubirizibwa okutunula mu baana baabwe bye basoma ku nnaku z'okubakyalira." }, { "english": "All schools in our area received fifty desks from the government last week.", "luganda": "Amasomero gonna mu kitundu kyaffe gaafuna entebe ataano okuva mu gavumenti wiiki ewedde." }, { "english": "Schools dismiss some students because of their bad conduct.", "luganda": "Amasomero gagoba abayizi abamu olw'enneeyisa yaabwe embi." }, { "english": "The inspector appealed to teachers to show a good example to learners.", "luganda": "Omulondoozi yasaba abasomesa okulaga ekyokulabirako ekirungi eri abayizi." }, { "english": "The school disciplinary committee punished a student for disrespecting teachers.", "luganda": "Akakiiko k'ebyempisa ku ssomero kaabonerezza omuyizi olw'obutawa basomesa kitiibwa." }, { "english": "Schools are preparing finalists for next year`s national examinations.", "luganda": "Amasomero gateekerateekera abayizi abali mu bibiina eby'akamalirizo ebigezo by'eggwanga lyonna omwaka ogujja." }, { "english": "The local council is doing everything possible to keep our village organised.", "luganda": "Akakiiko k'ekyalo kakola kyonna okisobola okukuuma ekyalo kyaffe nga kitebenkedde." }, { "english": "Traders are not comfortable with the rent charges in city markets.", "luganda": "Abasubuzi si batebenkevu n'ebisale by'obupangisa mu butale bw'omu kibuga." }, { "english": "The government has established modern market structures in big towns.", "luganda": "Gavumenti etaddewo ebizimbe by'obutale ebiri ku mutindo mu bibuga ebipya." }, { "english": "The city authority officers have confiscated the street vendor's properties today.", "luganda": "Abakungu b'akakiiko akaddukanya ekibuga bawambye ebintu by'abasuubuzi b'oku nguudo leero." }, { "english": "Most of the markets in Uganda lack enough space for expansion.", "luganda": "Obutale obusinga mu Uganda tebuyina bibangirizi we buyinza kugaziyirizibwa." }, { "english": "Business owners have several financial obligations to be fulfilled daily.", "luganda": "Bannannyini bizinesi bayina obuvunaanyizibwa bw'ebyensimbi obw'enjawulo obulina okutuukirizibwa." }, { "english": "Three market vendors were arrested for undermining the orders of the authority.", "luganda": "Abasuubuzi b'omu katale basatu baakwatiddwa olw'okuziimuula ebiragiro by'ekitongole." }, { "english": "The city authority has given vendors a two months grace period to vacate the streets.", "luganda": "Ekitongole ekiddukanya ekibuga kiwadde abasuubuzi ebbanga lya myezi ebiri okuva ku nguudo." }, { "english": "Women vendors complained to the market officers about sharing toilets with men.", "luganda": "Abasuubuzi abakyala beemulugunya eri abakungu b'akatale ku ky'okugabana kaabuyonjo n'abaami." }, { "english": "Sometimes the city council delays to collect garbage from the markets.", "luganda": "Ebiseera ebimu akakiiko akaddukanya ekibuga kalwawo okukungaanya kasasiro okuva mu butale." }, { "english": "Markets need security guards to prevent thieves from stealing peoples merchandise.", "luganda": "Obutale bwetaaga abakuumi okutangira ababbi okubba ebyamaguzi by'abantu." }, { "english": "The health officer advised all food stuff sellers to always keep their stalls clean.", "luganda": "Omukungu w'ebyobulamu yawadde abasuubuzi amagezi abatunda emmere bonna okukuuma emidaala gyabwe nga miyonjo." }, { "english": "The town council closed a number of markets because of poor toilet facilities.", "luganda": "Akakiiko k'ekibuga kaggala obutale obuwelako olwa kaabuyonjo embi." }, { "english": "Local market sells a variety of items at a cheaper price.", "luganda": "Obutale bw'omu byalo butunda ebintu eby'enjawulo ku miwendo egya wansi." }, { "english": "Local markets don't discriminate between the rich and the poor.", "luganda": "Obutale bw'omu byalo tebusosola wakati w'omugagga n'omwavu." }, { "english": "Most roadside markets lack enough parking space.", "luganda": "Obutake bw'oku mabbali g'enguudo obusinga tebulina bifo bimala kusimbamu bidduka." }, { "english": "A market caught fire last year and destroyed people's merchandise.", "luganda": "Akatale kaakwata omuliro omwaka oguwedde ne koonoona ebintu by'abantu." }, { "english": "People cut down a lot of trees for charcoal burning activities.", "luganda": "Abantu batema emiti emingi okwokyamu amanda." }, { "english": "The environment authority has put down several buildings constructed in swamps.", "luganda": "Ekitongole ky'obutonde bw'ensi kimenye ebizimbe ebiwerako ebyazimbibwa mu kitoogo." }, { "english": "The leader has put a lot of money in youths development activities.", "luganda": "Omukulembeze atadde ensimbi nnyingi mu mirimu gy'okukulaakulanya abavubuka." }, { "english": "Agriculture becomes difficult in dry areas.", "luganda": "Obulimi n'obulunzi bifuuka kuzibu mu bitundu ebirimu omusana." }, { "english": "The chairman led a group of youths who planted trees along the community streets.", "luganda": "Ssentebe yakulembeddemu ekibinja ky'abavubuka abaasimbye emiti ku nguudo z'omu kitundu." }, { "english": "Poor dumping of garbage causes damage to the environment.", "luganda": "Enkwata ya kasasiro embi ereeta obulabe eri obutonde." }, { "english": "The media exposes all bad activities people do to the environment.", "luganda": "Amawulire gooleka ebikolwa ebibi byonna abantu bye bakola eri obutonde." }, { "english": "Many fishermen use bad nets for fishing.", "luganda": "Abavubi bangi bakozesa obutimba obubi okuvuba." }, { "english": "Farmers use swamps for agricultural activities like vegetable cultivation.", "luganda": "Abalimi bakozesa ebitoogo okulimamu ebintu nga envendiirwa." }, { "english": "There is too much smoke from industries and vehicles that pollutes the environment.", "luganda": "Waliwo omukka mungi nnyo oguva mu makolero n'ebidduka ogukosa obutonde." }, { "english": "Nationals have planted many trees for commercial purposes.", "luganda": "Bannansi basimbye emiti mingi okufunamu ensimbi." }, { "english": "There are environment clubs in several schools in Uganda.", "luganda": "Waliwo ebibiina by'obutonde mu masomero ag'enjawulo mu Uganda." }, { "english": "The new bridge on River Nile is better than the old one.", "luganda": "Olutindo olupya ku mugga Nile lusinga olukadde." }, { "english": "People who use water transport are sometimes affected by the weather.", "luganda": "Abantu abakozesa entambula y'oku mazzi ebiseera ebimu bakosebwa embeera y'obudde." }, { "english": "The ship to Kalangala Island makes only one trip per day.", "luganda": "Emmeri egenda ku kizinga ky'e Kalangala ekola omulundi gumu gwokka buli lunaku." }, { "english": "Leaders face many challenges during their term in office.", "luganda": "Abakulembeze basanga ebibasoomooza bingi nga bali mu woofiisi." }, { "english": "Many people complain the money sent by the government doesn't reach in full.", "luganda": "Abantu bangi beemulugunya ssente ezisindikibwa gavumenti tezituuka mu bujjuvu." }, { "english": "Women have been trained in various income generating activities across the country.", "luganda": "Abakyaka batendekeddwa ku mirimu egy'enjawulo egivaamu ensimbi okwetoolola eggwanga." }, { "english": "Majority of people in Uganda grow crops basically for home consumption.", "luganda": "Abantu abasinga mu Uganda balima ebirime nga bya kuliibwa waka." }, { "english": "My friend uses tractors to carry out commercial farming in the village.", "luganda": "Mukwano gwagwe akozesa ttulakita okulima ebintu eby'ensimbi mu kyalo." }, { "english": "Leaders should tell people to have a saving culture if they want to develop.", "luganda": "Abakulembeze balina okugamba abantu okwemanyiiza okutereka ssente bwe baba gaagala okukulaakulana." }, { "english": "The country still faces refugee problems in northern Uganda.", "luganda": "Eggwanga likyasanga ebizibu by'abanoonyiboobubudamu mu bukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "The youths can now make liquid soap after the training.", "luganda": "Abavubuka kati basobola okukola ssabuuni w'amazzi oluvannyuma lw'okutendekebwa." }, { "english": "Banks offer loans to registering youth groups for development.", "luganda": "Banka ziwola ebibiina by'abavubuka ebyewandiisa ssente z'okwekulaakulanya." }, { "english": "Proper planning yields success in business.", "luganda": "Okuteekateeka obulungi kuvaamu obuwanguzi mu bizinensi." }, { "english": "This has greatly reduced the insecurity in the region.", "luganda": "Kino kikendeezezza nnyo obutali butebenkevu mu kitundu." }, { "english": "Some youths have invested their money in poultry farming.", "luganda": "Abavubuka abamu batadde ensimbi zaabwe mu kulunda enkoko." }, { "english": "The government has put much effort in promoting peace in the north.", "luganda": "Gavumenti etaddemu amaanyi mangi mu kutumbula emirembe mu bukiikakkono." }, { "english": "A number of organizations have worked closely with Northern districts to help refugees.", "luganda": "Ebitongole bingi bikoze ne disitulikiti z'obukiikakkono okuyamba abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "It is difficult to develop without good financial knowledge.", "luganda": "Kizibu okukulaakulana nga tolina magezi ga byansimbi." }, { "english": "Some people in Uganda don't know how to budget for their income.", "luganda": "Abantu abamu mu Uganda tebamanyi nkubalirira nsimbi zaabwe." }, { "english": "The acquired skills have helped in improving people's standard of living.", "luganda": "Obukugu obwafunibwa buyambye mu kutumbula embeera z'abantu ze bawangaaliramu." }, { "english": "Drinking of dirty water causes many diseases in people's lives.", "luganda": "Okunywa amazzi amakyafu kireeta endwadde nnyingi mu bulamu bw'abantu." }, { "english": "Peaceful means of solving conflicts are better than force.", "luganda": "Enkola z'emirembe okugonjoola obukuubagano zisinga amaanyi." }, { "english": "National corporation for water supplies clean water all over the country.", "luganda": "Ekitongole ekisaasaanya amazzi kirongoosa amazzi mu ggwanga lyonna." }, { "english": "Most people in villages are still fetching water from wells.", "luganda": "Abantu abasinga mu byalo bakyakima amazzi ku nzizi." }, { "english": "The national corporation charges affordable fees for water connection and consumption.", "luganda": "Ekitongole ky'amazzi kisaba ssente zisoboka ku kuyungibwa n'okukozesa amazzi." }, { "english": "Availability of water enables people to maintain proper hygiene.", "luganda": "Okubeerawo kw'amazzi kusobozesa abantu okukuuma obuyonjo." }, { "english": "Most individual work requires water supply.", "luganda": "Emirimu gy'abantu egisinga gyetaagisa okuba n'amazzi." }, { "english": "Police firefighters' teams have several water collection points across the city.", "luganda": "Poliisi ezizikiza omuliro zirina ebifo eby'enjawulo we ziggya amazzi okwetooloola ekibuga." }, { "english": "The development committee has constructed bore holes across the district.", "luganda": "Akakiiko k'eby'enkulaakulana kazimbye nnayikondo okwetooloola disitulikiti ." }, { "english": "The ministry of health recommends that all water for drinking should be boiled.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu esemba nti amazzi g'okunywa gonna gayina okufumbibwa." }, { "english": "There was no money to pay the staff.", "luganda": "Tewaliwo ssente kusasula bakozi." }, { "english": "They protested because of delayed payments.", "luganda": "Beekalakaasa olw'okulwawo okusasulwa." }, { "english": "The police officer was also arrested.", "luganda": "Omupoliisi naye yakwatiddwa." }, { "english": "The mob almost killed the officer.", "luganda": "Abantu abatwalira amateeka mu ngalo kaabuze kata batte omusirikale." }, { "english": "He was knocked down by a lorry.", "luganda": "Yatomerwa loore." }, { "english": "The incident happened before dusk.", "luganda": "Kyatuseewo nga tebunnawungeera." }, { "english": "The locals protested against poor service delivery.", "luganda": "Abatuuze beekalakaasa olw'empeereza embi." }, { "english": "The suspects tarnished the village name.", "luganda": "Abateeberezebwa baayonoona erinnya ly'ekyalo." }, { "english": "They were saved by the police.", "luganda": "Baataasibwa poliisi." }, { "english": "The suspects are in police custody.", "luganda": "Abateeberezebwa bali mu kaduukulu ka poliisi." }, { "english": "He denied having worked with the suspects.", "luganda": "Yeegaana okukolako n'abateeberezebwa." }, { "english": "The armed robbers worked at night.", "luganda": "Ababbi b'emmundu baakola ekiro." }, { "english": "They will be dealt with by the police.", "luganda": "Bajja kukolebwako ne poliisi." }, { "english": "Why was he taken to the court martial?", "luganda": "Lwaki yatwaliddwa mu kkooti ya bannamagye?" }, { "english": "The suspect looked apologetic.", "luganda": "Ateeberezebwa yafaanana okwetonda." }, { "english": "They received treatment from a nearby clinic.", "luganda": "Baafuna obujjanjabi okuva mu kalwaliro akaliraanyeewo." }, { "english": "The lorry was carrying alcohol and drugs.", "luganda": "Loore yali yeetisse omwenge n'ebiragalalagala." }, { "english": "Production of waragi was banned in Uganda.", "luganda": "Okufulumya omwenge kwawerebwa mu Uganda." }, { "english": "This was done to promote productivity in the community.", "luganda": "Kino kyakolebwa okutumbula obuyiiya mu kitundu." }, { "english": "Alcohol possesses a threat to the health of others.", "luganda": "Omwenge gwa bulabe eri obulamu bw'abalala." }, { "english": "Police were advised to stay out of the matter.", "luganda": "Poliisi yaweereddwa amagezi okuva mu nsonga." }, { "english": "The councillor educated the masses about the dangers of alcohol consumption.", "luganda": "Kansala yasomesa abantu ku bibi by'okunywa omwenge." }, { "english": "Alcoholism is a cause of death amongst the youth.", "luganda": "Obutamiivu kiviiriddeko okufa mu bavubuka." }, { "english": "The law was enforced by the policeman.", "luganda": "Etteeka lyateekebwa omupoliisi mu nkola." }, { "english": "Confisticated items are kept as evidence.", "luganda": "Ebinti ebiwambiddwa bikuumibwa ng'obujulizi." }, { "english": "The public should never take matters into its hands.", "luganda": "Abantu tebalina kutwalira nsonga mu ngalo zaabwe." }, { "english": "The accused will be taken to the courts of law.", "luganda": "Avunaanibwa ajja kutwalibwa mu mbuga z'amateeka." }, { "english": "They needed to improve the citizen's standards of living.", "luganda": "Baali beetaaga okutumbula embeera z'abatuuze ze bawangaaliramu." }, { "english": "The laws are enforced in different districts.", "luganda": "Amateeka gateekebwa mu nkola mu disitulikiti ez'enjawulo." }, { "english": "The refugee camp is a threat to other settlers.", "luganda": "Enkambi y'abanoonyiboobubudamu ya ntiisa eri abasenze abalala." }, { "english": "The camp lies north of the district.", "luganda": "Enkambi eri mu bukiikakkono bwa disitulikiti." }, { "english": "Funds have been raised to support the refugee camp.", "luganda": "Obuyambi bukungaanyiziddwa okuyamba enkambi y'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "Some districts unknowingly host refugees.", "luganda": "Disitulikiti ezimu zisenza abanoonyiboobubudamu nga tezimanyi." }, { "english": "More funds will be raised by the community for camps.", "luganda": "Obuyambi obulala bujja kukungaaanyizibwa abantu ku lw'enkambi." }, { "english": "They were told to let go of the refugees in police custody.", "luganda": "Baagambiddwa okuka abanoonyiboobubudamu abaabadde mu kaduukulu ka poliisi." }, { "english": "They claimed to not have received any money.", "luganda": "Baagamba nga bwe bataafuna ssente zonna." }, { "english": "The refugee settlement lies right next to the district.", "luganda": "Ekifo awasangibwa abanoonyiboobubudamu kiri mu bugwanjuba okuliraana disitulikiti." }, { "english": "Some people claimed it was a ghost settlement.", "luganda": "Abantu abamu baagamba nti obutuuze tebwaliyo." }, { "english": "The camps require fresh water for the people living there.", "luganda": "Enkambi zeetaaga amazzi amalungi eri abantu ababeera yo." }, { "english": "The land was provided by the neighboring districts.", "luganda": "Ettaka lyaweebwayo disitulikiti eziriranyeewo." }, { "english": "Government should provide resources to the refugees.", "luganda": "Gavumenti erina okuwa abanoonyiboobubudamu ebikozesebwa." }, { "english": "They confirmed the camp's presence via phone.", "luganda": "Baakakasizza okubaawo kw'enkambi nga bayita ku ssimu." }, { "english": "It was not a ghost refugee camp.", "luganda": "Enkambi y'abanoonyiboobubudamu teyaliiwo mu bulimba." }, { "english": "The refugees requested for better standards of living.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu baasabye embeera gye bawangaaliramu okukolwako." }, { "english": "They also want food and clean water.", "luganda": "Baayagala nabo emmere n'amazzi ebiyinjo." }, { "english": "The officials will communicate camp needs to the government.", "luganda": "Abakungu bajja kwogera eby'etaago by'enkambi y'abanoonyiboobubudamu eri gavumenti." }, { "english": "It is unclear when the refugees will settle in the camp.", "luganda": "Tekinnamanyika ddi abanoonyiboobubudamu we banaabeera mu nkambi." }, { "english": "The leaders are responsible for unity in the refugee camps.", "luganda": "Abakulembeze bavunaanyizibwa ku bumu mu nkambi z'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "A budget should be established to cater for the refugees.", "luganda": "Embalirira erina okuteekebwawo okulabirira abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "The camp leaders are not on good terms.", "luganda": "Abakulembeze b'enkambi tebali mu mbeera nnungi." }, { "english": "The refugees request for a larger settlement.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu baasabye okwongerwa ku kifo we babeera." }, { "english": "The districts should handle their conflicts internally.", "luganda": "Disitulikiti zirina okukwasaganya obukuubagano bwazo munda." }, { "english": "The leaders are responsible for community disputes.", "luganda": "Abakulembeze bavunaanyibwa ku butakkaanya bw'ekitundu." }, { "english": "Both districts need to settle down and reconcile.", "luganda": "Disitulikiti zombi zeetaaga okutuula wansi zoogerezeganye." }, { "english": "The disagreements resulted from the unjust sharing of resources.", "luganda": "Obutakkaanya bwava ku kugabana bikozesebwa." }, { "english": "They should help one another prosper.", "luganda": "Balina okuyambagana okuwangula." }, { "english": "One of the districts broke out of the established union.", "luganda": "Emu ku zi disitulikiti yavudde mu mukago ogwassibwawo." }, { "english": "The division will affect both districts negatively.", "luganda": "Enjawukana ejja kukosa bubi disitulikiti zombi." }, { "english": "They found a gun in one of the districts.", "luganda": "Baasanga emmundu mu emu ku zi disitulikiti." }, { "english": "The gun belonged to the police officers.", "luganda": "Emmundu yali ya basirikale." }, { "english": "It was used by one of the suspects for personal reasons.", "luganda": "Yakozesebwa omu ku bateeberezebwa olw'ensonga ze nga ye." }, { "english": "The gunmen killed one police officer.", "luganda": "Abasajja b'emmundu batta omu ku basirikale." }, { "english": "Leaders are advised to remain vigilant during these uncertain times.", "luganda": "Abakulembeze bakubirizibwa okusigala nga beegendereza mu biseera ebyakazzigizzigi." }, { "english": "The refugees have been warned to stay in Uganda for their own security.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu balabuddwa okusigala mu Uganda olw'ebyokwerinda byabwe." }, { "english": "Refugees with guns have been advised to surrender.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu abalina emmundu bawereddwa amagezi okuziwaayo." }, { "english": "Officers will retrieve the illegal guns.", "luganda": "Abasirikale bajja kununula emmundu eri mu bumenyi bw'amateeka." }, { "english": "Refugees with guns will be dealt with by the police.", "luganda": "Abanoonyibobubudamu abalina emmundu bajja kukolebwako ne poliisi." }, { "english": "They have recovered three guns already.", "luganda": "Baakanunulako emmundu ssatu." }, { "english": "The guns were received after they received a resident tip.", "luganda": "Emmundu zaanunuddwa oluvannyuma lw'okufuna obubaka bw'omutuuze." }, { "english": "The community should fight against the use of illegal guns.", "luganda": "Abantu balina okulwanyisa okukozesa kw'emmundu okuli mu bumenyi bw'amateeka." }, { "english": "More teachers should be deployed in the refugee schools.", "luganda": "Abasomesa abalala balina okuteekebwa mu masomero g'abanonnyiboobubudamu." }, { "english": "The teachers complained of excessive workload.", "luganda": "Abasomesa beemulugunyizza ku mirimu egisusse." }, { "english": "The teachers requested for government aid in the schools.", "luganda": "Abasomesa baasabye obuyambi bwa gavumenti mu masomero." }, { "english": "More teachers will be provided in the government schools.", "luganda": "Abasomesa abalala bajja kuteekebwa mu masomero ga gavumenti." }, { "english": "More teacher transfers will be made next year.", "luganda": "Okukyusakyusa kw'abasomesa okulala kujka kukolebwa omwaka ogujja." }, { "english": "Schools request for more teachers to handle the school population.", "luganda": "Amasomero gasaba abasomesa abalala okukwasaganya omuwendo gw'abayizi mu ssomero." }, { "english": "He said his school has over one thousand learners.", "luganda": "Yagamba nti essomero lye lirina abayizi abasukka mu lukumi." }, { "english": "These teachers will help improve student performance.", "luganda": "Abasomesa bano bajja kuyamba okutumbula ku nkola y'abayizi." }, { "english": "There is not enough accomodation for teachers at the schools.", "luganda": "Tewali bisulo bya basomesa bimala ku ssomero." }, { "english": "A teacher will have over forty students.", "luganda": "Omusomesa ajja kubeera n'abayizi abasukka mu ana." }, { "english": "More teachers will improve school performances.", "luganda": "Abasomesa abalala bajja kutumbula enkola z'essomero." }, { "english": "Understaffed schools will receive more equipment.", "luganda": "Amassomero agalina abakozi abatono gajja kufuna ebikozesebwa ebirala." }, { "english": "The transfers were initiated by the government.", "luganda": "Okukyusibwakyusibwa kwatandikibwawo gavumenti." }, { "english": "The teachers will help improve school performances.", "luganda": "Abasomesa bajja kuyamba okutumbula enkola z'essomero." }, { "english": "The teachers will receive support from major organizations.", "luganda": "Abasomesa bajja kufuna obuyambi okuva mu bitongole ebinene." }, { "english": "They will collaborate with three new districts.", "luganda": "Bajja kukwatagana ne disitulikiti empya ssatu." }, { "english": "The project will start as soon as possible.", "luganda": "Pulojekiti ejja kutandika mu bwangu ddala." }, { "english": "The program will promote access to safe education.", "luganda": "Enteekateeka ejja kuleetawo ensoma ennungi." }, { "english": "All groups will be taught irrespective of their backgrounds.", "luganda": "Ebibinja byonna bijja kusomesebwa nga tebafudde ku nsibuko yaabyo." }, { "english": "Uganda should utilize technical solutions in the education sector.", "luganda": "Uganda erina okukozesa amagezi ag'ekikugu mu kitongole ky'ebyenjigiriza." }, { "english": "The refugees request that the government responds to their needs.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu baasabye nti gavumenti ekole ku byeetago byabwe." }, { "english": "The refugee schools are congested with poor sanitation.", "luganda": "Amasomero g'abanoonyiboobubudamu gajjudde obukyafu." }, { "english": "Violence is as a result of ethnic differences.", "luganda": "Obutabanguko buva ku njawukana mu mawanga." }, { "english": "Schools should preach against sexual abuse and violence.", "luganda": "Amasomero galina okuvumirira okukabasanya mu by'okwegatta n'obutabanguko." }, { "english": "Teachers should promote unity in schools.", "luganda": "Abasomesa balina okukubiriza obumu mu masomero." }, { "english": "School going refugees should stay away from conflicts.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu abasoma balina okwewala obukuubagano." }, { "english": "The project will solve conflicts between communities.", "luganda": "Pulojekiti ejja kumalawo obukuubagano mu bitundu." }, { "english": "Teachers are advised to promote peace amongst schools.", "luganda": "Abasomesa bakubirizibwa okukubiriza emirembe mu masomero." }, { "english": "Some of the residents were found guilty.", "luganda": "Abamu ku batuuze baasangiddwa nga balina emisango." }, { "english": "Residents requested for enough time to travel back home.", "luganda": "Abatuuze baasabye obudde obumala okudda ewaka." }, { "english": "I was requested to address the congregation.", "luganda": "Nasabibwa okwogera eri olukungaana." }, { "english": "He pleaded innocent during the court session.", "luganda": "Yeewozaako nga bw'atalina musango mu lutuula lwa kkooti." }, { "english": "We do not know when the court session will be held.", "luganda": "Tetumanyi ddi olutuula lwa kkooti lwe lunaabaayo." }, { "english": "They postponed the court session to next week.", "luganda": "Bayongezzaayo olutuula lwa kkooti okutuuka wiiki ejja." }, { "english": "She faxed the court today.", "luganda": "Yasindise ekiwandiiko mu kkooti leero." }, { "english": "Investigations regarding the robbery case are still ongoing.", "luganda": "Okunoonyereza ku musango gw'obubbi kukyagenda mu maaso." }, { "english": "The police did not investigate the case .", "luganda": "Poliisi teyanoonyereza ku musango." }, { "english": "The number of lawyers is still low.", "luganda": "Omuwendo gw'abalamuzi gukyali wansi." }, { "english": "There is a need for more lawyers in Uganda.", "luganda": "Waliwo obwetaavu bw'abalamuzi abalala mu Uganda." }, { "english": "Most workers feel overworked by their jobs.", "luganda": "Abakozi abasinga bawulira bakozesebwa nnyo ku mirimu gyabwe." }, { "english": "They were told to submit the report to the district officials.", "luganda": "Baagambiddwa okuwaayo alipoota eri abakungu ba disitulikiti." }, { "english": "They wrote a letter of complaint to the chairman.", "luganda": "Baawandika ebbaluwa y'okwemulugunya eri ssentebe." }, { "english": "More subcounties have been declared in Kampala.", "luganda": "Amagomolola amalala galangiriddwa mu Kampala." }, { "english": "Our subcounty has been developed.", "luganda": "Eggombola yaffe ekulaakulanyiziddwa." }, { "english": "Security guards were employed to protect us", "luganda": "Abakuumi baaletebwa okutukuuma" }, { "english": "They read our letter of complaint today.", "luganda": "Baasomye ebbaluwa yaffe ey'okwemulugunya leero." }, { "english": "I am very unhappy with the new leadership.", "luganda": "Siri musanyufu yadde n'obukulembeze obuggya." }, { "english": "We have not benefited anything from his governance.", "luganda": "Tetulina kyonna kye tuganyuddwa mu bukulembeze bwe." }, { "english": "There is a lot of injustice in Uganda.", "luganda": "Waliwo obutali bwenkanya bungi mu Uganda." }, { "english": "They refused to participate in the riots.", "luganda": "Baagana okwetaba mu bwegugungo." }, { "english": "A new cabinet was appointed today.", "luganda": "Akakiiko akapya kaalondeddwa leero." }, { "english": "We can not afford transport to the village.", "luganda": "Tetusobola ntambula kugenda mu kyalo." }, { "english": "My father went to the village.", "luganda": "Taata wange yagenda mu kyalo." }, { "english": "They reported their family disputes to police.", "luganda": "Baalopa okutakkaanya bw'amaka gaabwe ku poliisi." }, { "english": "The chairman called my family for a meeting.", "luganda": "Ssentebe yayita amaka gange mu lukiiko." }, { "english": "They failed to agree all through the meeting.", "luganda": "Baalemerewa okukkaanya mu lukiiko lwonna." }, { "english": "His manifesto focused on equality.", "luganda": "Manifesito ye essira yalitadde ku mwenkanonkano." }, { "english": "We were availed with money to start up businesses.", "luganda": "Twaweebwa ssente okutandikawo zi bizinensi." }, { "english": "The president told us to avoid mob justice.", "luganda": "Pulezidenti yatugamba okwewala okutwalira amateeka mu ngalo." }, { "english": "We need our student identity cards to sit examinations.", "luganda": "Twetaaga ayidenti kkaadi z'abayizo baffe okutuula ebigezo." }, { "english": "The ballots are being counted.", "luganda": "Obululu buli mu kubalibwa." }, { "english": "I do not have a birth certificate.", "luganda": "Sirina satifikeeti ya buzaale bwange." }, { "english": "Our parents were requested to submit our birth certificates to the school.", "luganda": "Bazadde baffe baasabiddwa okuwaayo satifikeeti z'obuzaale bwaffe ku ssomero." }, { "english": "Some students did not submit their documents.", "luganda": "Abayizi abamu tebaawaayo biwandiiko byabwe." }, { "english": "Some parents are illiterate.", "luganda": "Abazadde abamu tebamanyi kusoma na kuwandiika." }, { "english": "He was arrested for impersonation.", "luganda": "Yakwatiddwa lwa kwefuula ky'atali." }, { "english": "We did not register for exams.", "luganda": "Twetwewandiisizza kukola bigezo." }, { "english": "The director said we should all register before the weekends.", "luganda": "Omukulu yagambye nti ffenna tulina okwewandiisa nga ssabbiiti tennatuuka." }, { "english": "Many students will not sit for final exams.", "luganda": "Abayizi bangi tebajja kutuula bigezo by'akamalirizo." }, { "english": "Some students are registered as refugees.", "luganda": "Abayizi abamu baawaandiikibwa nga abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "He was advised to acquire refugee status.", "luganda": "Yaweebwa amagezi okufuna ekimulaga nti munoonyi wa bubudamu." }, { "english": "The number of school dropouts is so high.", "luganda": "Omuwendo gw'abawanduka mu ssomero guli waggulu nnyo." }, { "english": "Parents are advised to support their children while in school.", "luganda": "Abazadde baweebwa amagezi okuyamba ku baana baabwe nga bali mu ssomero." }, { "english": "Their birth certificates are nowhere to be found.", "luganda": "Satifikeeti z'obuzaale bwabwe tezirabikako." }, { "english": "They complained about the loss of their documents by the school administration.", "luganda": "Beemulugunya ku bakulu b'essomero okubuza ebiwandiko byabwe." }, { "english": "Students must be counted before the exam.", "luganda": "Abayizi balina okubalibwa ng'ekigezo tekinnatandika." }, { "english": "Parents were requested to clear the school fees balances.", "luganda": "Abazadde baasabibwa okusasula ebisale by'essomero ebibabanjibwa." }, { "english": "The hospital stocked medicine.", "luganda": "Eddwaliro lyaleese eddagala." }, { "english": "The refugees were offered accommodation.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu baaweebwa aw'okusula." }, { "english": "The visitors donated medical equipment to the hospital.", "luganda": "Abagenyi baawaddeyo ebikozesebwa mu ddwaliro." }, { "english": "The equipment was registered by the chairman.", "luganda": "Ebikozesebwa byawandiisibwa ssentebe." }, { "english": "She was admitted in ward two.", "luganda": "Yaweereddwa ekitanda mu kasenge nnamba bbiri." }, { "english": "The director of the hospital was so grateful for the donations made.", "luganda": "Omukulu w'eddwaliro yasiimye nnyo ebintu ebyaweereddwayo." }, { "english": "They were educated about reproductive health.", "luganda": "Baasomeseddwa ku bikwata ku kuzaala." }, { "english": "Girls were educated about mental health.", "luganda": "Abawala baasomeseddwa ku bikwata ku bwongo." }, { "english": "Many infants have lost their lives.", "luganda": "Abaana abato bangi bafiiriddwa obulamu bwabwe." }, { "english": "Refugees are seen as a challenge in some parts of the country.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu balabibwa ng'okusoomooza mu bitundu by'eggwanga ebimu." }, { "english": "There are high rates of maternal mortality.", "luganda": "Omuwendo gw'abakyala abafiira mu ssanya guli waggulu." }, { "english": "Measures are being taken to curb maternal child mortality.", "luganda": "Empenda zitemebwa okukendeeza omuwendo gw'abakyala abafa nga bazaala." }, { "english": "More health centers are to be constructed in my village.", "luganda": "Amalwaliro amalala gazimbibwa mu kyalo kyange." }, { "english": "People should carry out peaceful elections.", "luganda": "Abantu balina okulonda mu mirembe." }, { "english": "Refugees should not be segregated.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu tebalina kusosolebwa." }, { "english": "She complained about the poor working conditions.", "luganda": "Yeemulugunya ku mbeera mbi mw'akolera." }, { "english": "They failed to agree upon what to do .", "luganda": "Baalemererwa okukkaanya ku ky'okukola." }, { "english": "There is a need to deploy security guards at the border .", "luganda": "Waliwo obweetavu bw'okuteeka abakuumi ku nsalo." }, { "english": "People do not know the border districts.", "luganda": "Abantu tebamanyi disitulikiti ziri ku nsalo." }, { "english": "People carry out a lot of business at the border.", "luganda": "Abantu bakolera bizinensi nnyingi ku nsalo." }, { "english": "Some refugees were recruited into the army.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu abamu baayingizibwa mu magye." }, { "english": "He signed a peace agreement after the war .", "luganda": "Yassa omukono ku ndagaano y'emirembe ng'olutalo luwedde ." }, { "english": "They agree to hold the elections next month.", "luganda": "Bakkiriziganyizza okubaayo n'okulonda omwezi ogujja." }, { "english": "They requested to be excused from payment of taxes.", "luganda": "Baasaba okusonyiyibwa okuwa emisolo." }, { "english": "They purchased more building materials.", "luganda": "Baagula ebikozesebwa okuzimba ebirala." }, { "english": "All workers attended a meeting chaired by their boss.", "luganda": "Abakozi bonna baazze mu lukiiko olwakubiriziddwa mukama waabwe." }, { "english": "They threatened to strike over pay.", "luganda": "Baatiisatiisizza okwekalakaasa olw'eby'ensasula." }, { "english": "The students vandalized a lot of school property during the demonstration.", "luganda": "Abayizi baayonoona ebintu by'essomero bingi mu kwekalakaasa." }, { "english": "The student rioters were arrested.", "luganda": "Abayizi abeegugunzi baakwatiddwa." }, { "english": "All the classroom windows were broken during the strike.", "luganda": "Amadirisa g'ekibiina gonna gaayasiddwa mu kwekalakaasa." }, { "english": "Students requested administrators to listen to their cries.", "luganda": "Abayizi baasaba abakulembera essomero okuwuliriza emiranga gyabwe." }, { "english": "They constructed a new dormitory.", "luganda": "Baazibye ekisulo ekipya." }, { "english": "A lot of students' property got burnt in the dormitory.", "luganda": "Ebintu by'abayizi bingi byajjiiridde mu kisulo." }, { "english": "They requested the students to write down all their challenges.", "luganda": "Baasaba abayizi okuwandiika ebibasoomooza byonna." }, { "english": "The leader of the strike was expelled.", "luganda": "Eyakulemberamu okwekalakaasa yagobeddwa." }, { "english": "Parents should advise their children not to strike.", "luganda": "Abazadde balina okubuulirira abaana baabwe obuteekalakaasa." }, { "english": "He was told to replace all the school property that had been vandalized.", "luganda": "Yagambiddwa okuzaawo ebintu by'essomero byonna ebyayonoonebwa." }, { "english": "They punished all chaotic students.", "luganda": "Baabonerezza abayizi b'obuvuyo bonna." }, { "english": "The board of governors met to discuss the penalties for the student rioters.", "luganda": "Akakiiko akakulembeze kaasisinkana okukubanganya ebirowoozo ku ngassi z'abayizi abeekalakaasa." }, { "english": "The government has built several schools.", "luganda": "Gavumenti ezimbye amasomero ag'enjawulo." }, { "english": "Students were told not to litter the school compound.", "luganda": "Abayizi baagambibwa obutasuulasuula kasasiro mu luggya lw'essomero." }, { "english": "They volunteered to sweep the streets this week.", "luganda": "Beewayo okwera enguudo wiiki eno." }, { "english": "My village is very clean.", "luganda": "Ekyalo kyange kiyonjo nnyo." }, { "english": "A new health center is being built in the region.", "luganda": "Eddwaliro eppya lizimbibwa mu kitundu." }, { "english": "More health workers should be employed in the hospital.", "luganda": "Abasawo abalala balina okuleetebwa mu ddwaliro." }, { "english": "The number of health workers is so small compared to the patients.", "luganda": "Omuwendo gw'abasawo mutono nnyo bw'ogugeraageranya ku balwadde." }, { "english": "The hospital can not accommodate very many patients.", "luganda": "Eddwaliro terisobola kusuza balwadde bangi nnyo." }, { "english": "We told the president about the poor health service delivery in our region.", "luganda": "Twagamba pulezidenti ku byobulamu ebibi mu kitundu kyaffe." }, { "english": "Many people have limited access to clean water.", "luganda": "Abantu bangi tebalina mazzi mayonjo gamala." }, { "english": "Doctors should treat patients in a respectful manner.", "luganda": "Abasawo balina okujjanjaba abantu mu ngeri ey'ekitiibwa." }, { "english": "Doctors have not received their salaries yet .", "luganda": "Abasawo tebannafuna misaala gyabwe." }, { "english": "We earn very low wages.", "luganda": "Tufuna emisaala mitono nnyo." }, { "english": "They were given their monthly allowance today.", "luganda": "Baaweereddwa akasiimo kaabwe ak'omwezi leero." }, { "english": "The district council put a ban on commercial charcoal businesses.", "luganda": "Akakiiko ka disitulikiti kaawera buzinensi z'amanda." }, { "english": "The council has failed to implement its resolutions.", "luganda": "Akikiiko kalemereddwa okuteeka ebyatuukibwako mu nkola." }, { "english": "District officials permitted the illegal cutting down of trees.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti bakkiriza okuteema emiti okutali mu maateeka." }, { "english": "The district has provided people with trees for planting.", "luganda": "Disitulikiti ewadde abantu emiti gy'okusimba." }, { "english": "Some district officials do not attend council meetings.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti abamu tebabeera mu nkiiko z'akakiiko." }, { "english": "The district will delay the payments of non-performing civil servants.", "luganda": "Disitulikiti ejja kulwawo okusasula abakozi ba gavumenti abatakola." }, { "english": "The district needs to recruit competent people.", "luganda": "Disitulikiti yeetaga okuwa abantu emirimu abamanyi kye bakola." }, { "english": "The district has established a team to monitor public servants.", "luganda": "Disitulikiti etaddewo ttiimu okulondoola abakozi ba gavumenti." }, { "english": "The district has suspended the non-performing staff at the district.", "luganda": "Disitulikiti eweze abakozi abatakola ku disitulikiti." }, { "english": "Refugees lack food to eat.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu tebalina mmere ya kulya." }, { "english": "Government has carried out a survey to find out the challenges faced by refugees.", "luganda": "Gavumenti ekkoze okunoonyereza okuzuula ebisoomooza abanoonyiboobubudamu bye basanga." }, { "english": "The refugees have been given land to engage in Agricultural activities.", "luganda": "Abanooonyiboobubudamu bawereddwa ettaka ly'okulimirako." }, { "english": "The district has established new education infrastructures.", "luganda": "Disitulikiti etaddewo ebizimbe by'okusomeramu ebipya." }, { "english": "People lack income to finance their business projects.", "luganda": "Abantu tebalina ssente kuteeka ku pulojekiti zaabwe ez'eby'obusuubuzi." }, { "english": "The district will solicit money from the government to improve service provision.", "luganda": "Disitulikiti ejja kusonda ssente okuva mu gavumenti okwongera ku mutindo gw'obuweereza." }, { "english": "The government lacks finances to establish new infrastructures in the area.", "luganda": "Gavumenti terina ssente kuteekawo bintu ebigasiza abantu awamu ebipya." }, { "english": "The government has allocated funds for road construction.", "luganda": "Gavumenti ettadewo ssente z'okuzimba oluguudo." }, { "english": "Refugees have poor standards of living.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu babeera mu mbeera embi." }, { "english": "Refugees have no access to better medical services.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu tebalina bya bujjanjabi birungi." }, { "english": "Girls in refugee camps lack sanitary pads.", "luganda": "Abawala mu nkambi z'abanoonyiboobubudamu tebalina ppamba wa kikyala." }, { "english": "Women have been given funds to boost their businesses.", "luganda": "Abakyala baweereddwa ssente okukulaakulanya bizinensi zaabwe." }, { "english": "Funds allocated for refugees were misappropriated.", "luganda": "Ensimbi ezaaweebwa abanonnyiboobubudamu zaakozesebwa bubi." }, { "english": "The government provide finances to refugee hosting communities.", "luganda": "Gavumenti ewaayo ssente mu bitundu ebirimu abanoonyiboobubudamu" }, { "english": "The district will monitor government projects in the area.", "luganda": "Disitulikiti ejja kulondoola pulojekiti za gavumenti mu kitundu." }, { "english": "The district has registered people with business proposals.", "luganda": "Disitulikiti ewandiisizza abantu abalina amabago ga bizinensi." }, { "english": "The government will construct markets for the people.", "luganda": "Gavumenti ejja kuzimbira abantu obutale." }, { "english": "The government will carry out road reconstruction in Moyo and Obongi.", "luganda": "Gavumenti ejja kuddamu okukola enguudo mu Moyo ne Obongi." }, { "english": "The government will construct hospitals in the area.", "luganda": "Gavumenti ejja kuzimba amalwaliro mu kitundu." }, { "english": "Leaders should work together to effectively implement government projects.", "luganda": "Abakulembeze balina okukolera awamu okuteekesa obulungi pulojekiti za gavumenti mu nkola." }, { "english": "Moyo district officials were assigned the task of coordinating government projects.", "luganda": "Abakungu b'e Moyo baaweereddwa omulimu gw'okukwasaganya pulojekiti za gavumenti." }, { "english": "Obongi has become independent as a district.", "luganda": "Obongi kati yeetengeredde nga disitulikiti." }, { "english": "Government should be fair in allocating equalisation grants.", "luganda": "Gavumenti erina okubeera ennenkanya ng'egabanya obuyambi." }, { "english": "Moyo and Obongi districts have conflicted over three billion shillings.", "luganda": "Disitulikiti za Moyo ne Obongi kukuubaganye ku buse bw'ensimbi busatu." }, { "english": "The ministry of local government should solve conflicts between Moyo and Obongi.", "luganda": "Minisutule ya gavumenti z'ebitundu erina okugonjoola obukuubagano wakati wa Moyo ne Obongi." }, { "english": "The officials should work together to enhance service provision in their respective districts.", "luganda": "Abakungu balina okukolera awamu okutumbula obuweereza mu disitulikiti zaabwe ez'enjawulo." }, { "english": "The government established refugee camps .", "luganda": "Gavumenti yataddewo enkambi z'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "He comes from Moyo district.", "luganda": "Ava mu disitulikiti y'e Moyo." }, { "english": "The government introduced Universal primary education in the area.", "luganda": "Gavumenti yatadiseewo okusoma kwa bonnabasome mu kitundu." }, { "english": "The district education officer informed primary schools not to promote poorly performing pupils.", "luganda": "Omukungu w'ebyenjigiriza mu disitulikiti yategeeza amasomero ga pulayimale obutayisa baana bakola bubi." }, { "english": "Universal primary education will improve on the quality of education services in the area.", "luganda": "Okusoma kwa bonnabasome kujja kutumbbula omutindo gw'ebyensoma mu kitundu." }, { "english": "Some students will be promoted on probation.", "luganda": "Abayizi abamu bajja kuyisibwa ku kugezesebwa." }, { "english": "Pupils don't read when they are given automatic promotion.", "luganda": "Abayizi tebasoma singa bayisibwa buyisibwa." }, { "english": "Thirty six candidates got first grades in the primary leaving examinations.", "luganda": "Abayizi asatu mu mukaaga baayitira mu ddaala erisooka mu bibuuzo bya pulayimale by'akamalirizo." }, { "english": "Teachers are not focused towards equipping learners with knowledge.", "luganda": "Abasomesa tebafaayo kuwa bayizi kumanya." }, { "english": "Teachers are not well paid.", "luganda": "Abasomesa tebasasulwa bulungi." }, { "english": "Schools will promote pupils who have a decent performance.", "luganda": "Amasomero gajja kuyisa abayizi abakola obulungi." }, { "english": "The district lacks qualified teachers", "luganda": "Disitulikiti terina abasomesa abakugu." }, { "english": "Teachers do not complete the school curriculum.", "luganda": "Abasomesa tebamalaayo bye bateekeddwa kusomesa." }, { "english": "The district education officer has failed to monitor schools in the area.", "luganda": "Omukungu w'ebyenjigiriza mu disitulikiti alemereddwa okulondoola amasomero mu kitundu." }, { "english": "Pupils are not well fed at school.", "luganda": "Abayizi tebaliisibwa bulungi ku ssomero." }, { "english": "Teachers should give students daily tests and exercises.", "luganda": "Abasomesa balina okuwa abayizi okugezesebwa n'emirimu gy'okukola buli lunaku." }, { "english": "Pupils should be promoted on merit.", "luganda": "Abayizi balina okuyisibwa okusinziira ku busobozi bwabwe." }, { "english": "Moyo general hospital is not well facilitated.", "luganda": "Eddwaliro ly'e Moyo ekkulu teririimu bulungi bikozesebwa." }, { "english": "Moyo general hospital lacks capacity to provide health services to the increasing population.", "luganda": "Eddwaliro ly'e Moyo ekkulu teririna busobozi kuwa bujjanjabi ku muwendo gw'abantu ogweyongera." }, { "english": "Moyo hospital lacks beds to admit patients.", "luganda": "Eddwaliro ly'e Moyo teririna bitanda bya kuteekako balwadde." }, { "english": "Moyo general hospital was rehabilitated in two thousand seventeen.", "luganda": "Eddwaliro ly'e Moyo ekkulu lyaddaabirizibwa mu nkumi bbiri mu kkumi na musanvu." }, { "english": "Moyo general hospital should provide health extension services to the people.", "luganda": "Eddwaliro ly'e Moyo ekukkulu lirina okusembeza abantu obujjanjabi." }, { "english": "The hospital lacks medical personnel to handle patients.", "luganda": "Eddwaliro teririna basawo kukola ku balwadde." }, { "english": "There are increasing cases of early pregnancies in the district.", "luganda": "Omwendo gw'abaana abafuna embuto nga tebanneetuka gweyongedde mu disitulikiti." }, { "english": "Girls face complications during delivery.", "luganda": "Abawala basanga obuzibu nga bazaala." }, { "english": "Moyo general hospital lacks medical equipment.", "luganda": "Eddwaliro ly'e Moyo ekkulu teririna bikozesebwa." }, { "english": "National Medical Stores is inconsistent in providing medical supplies.", "luganda": "Etterekero ly'eddagala mu ggwanga likyukakyuka mu ngaba y'ebikozesebwa mu kujjanjaba." }, { "english": "People with disabilities will have access to employment opportunities.", "luganda": "Abantu abaliko obulemu bajja kusobola okufuna emirimu." }, { "english": "The government has warned against discriminating against people with disabilities.", "luganda": "Gavumenti erabudde ku kusosola abantu abalina obulemu." }, { "english": "People with disabilities have acquired capital to set up their own businesses.", "luganda": "Abantu abalinko obulemu bafunye entandikwa okweteekerawo bizinensi zaabwe." }, { "english": "District officials are united.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti bakwatagana." }, { "english": "The district organised a conference to equip skills to the people with disabilities.", "luganda": "Disitulikiti yategeka olukungaana okuwa abantu abaliko obulemu obukugu." }, { "english": "The disabled acquired skills in carpentry and welding.", "luganda": "Abaliko obulemu baafunye obukugu mu kubajja n'okwokya ebyuma." }, { "english": "The disabled started their own businesses.", "luganda": "Abaliko obulemu beetandikiddewo bizinensi zaabwe." }, { "english": "The district aims at improving the standards of living of the people.", "luganda": "Disitulikiti eruubirira kutumbula mbeera z'abantu ze bawangaaliramu." }, { "english": "People with disabilities acquired income from welding tailoring and hairdressing.", "luganda": "Abantu abaliko obulemu baafuna ssente okuva mu kwokya ebyuma okutunga n'okusiba enviiri." }, { "english": "Disability is not inability.", "luganda": "Obulema si buteesobola." }, { "english": "People with disabilities have improved their standards of living.", "luganda": "Abantu abaliko obulemu batumbudde embeera z'obulamu bwabwe." }, { "english": "People with disabilities have become self dependent.", "luganda": "Abantu abaliko obulemu kati beemalirira." }, { "english": "People are working towards achieving social economic development.", "luganda": "Abantu bakolerera kukulaakulana mu byenfuna ebibagattira awamu." }, { "english": "People with disabilities have been given sponsorships.", "luganda": "Abantui abaliko obulemu baweereddwa sikaala." }, { "english": "The government should establish a specific budget for the people with disabilities.", "luganda": "Gavumenti erina okuteekawo embalirira ey'enjawulo ey'abantu abaliko obulemu." }, { "english": "The district has encouraged technical education in the area.", "luganda": "Disitulikiti etadde amaanyi mu kusoma kw'ebyemikono mu kitundu." }, { "english": "District officials were warned against accepting bribes during the national identity card registration exercise.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti balabuddwa ku kukkiriza enguzi mu kwewandiisa kw'okufuna endagamuntu." }, { "english": "Only Ugandan citizens are eligible to receive national identity cards.", "luganda": "Bannayunda bokka be balina okufuna endagamuntu." }, { "english": "Refugees will not receive national identity cards.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu tebajja kufuna ndagamuntu." }, { "english": "The district officials took bribes in the national identity card registration exercise.", "luganda": "Abakungu ba disitulikit baalya enguzi mu kwewandiisa kw'okufuna endagamuntu." }, { "english": "The identity card registration exercise was extended to people's homes.", "luganda": "Okwewandisa kw'okufuna endagamuntu kwatuusibwa mu maka g'abantu." }, { "english": "Ugandans should register for national identification cards.", "luganda": "Bannayungada balina okwewandiisa okufuna endagamuntu." }, { "english": "Some people have not received their national identity cards.", "luganda": "Abantu abamu tebannafuna ndagamuntu zaabwe." }, { "english": "Eighty nine percent of the adults received their national identity cards in Moyo district.", "luganda": "Bitundu kinaana mu mwenda ku kikumi eb'abantu abakulu baafuna endagamuntu zaabwe mu disitulikiti y'e Moyo." }, { "english": "Refugees conflicted with the people of Moyo over land.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu baakuubaganye n'abantu b'e Moyo ku ttaka." }, { "english": "A birth registration exercise will commence to ease the acquisition of national identity cards.", "luganda": "Okuwandiisa abazaaliddwa kujja kutandika kyanguye enfuna y'endagamuntu." }, { "english": "The district officials have failed to cooperate with refugee leaders.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti balemereddwa okukolagana n'abakulembeze b'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "Refugees were registered in the national identity card registration exercise.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu baawandisiibwa mu kwewandiisa kw'endagamuntu." }, { "english": "District officials should involve people in decision making.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti balina okwetabyamu abantu mu kukola okusalawo." }, { "english": "District officials have failed to implement district plans.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti baremereddwa okuteeka mu nnkola enteekateeka za disitulikiti." }, { "english": "District leaders should resolve conflicts between the refugees and the hosting communities.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti balina okugonjoola obukuubagano wakati w'abanoonyiboobubudamu n'ababasenza." }, { "english": "Moyo district hosts two hundred thousand refugees.", "luganda": "Disitulikiti y'e Moyo erimu abanoonyiboobubudamu emitwalo abiri." }, { "english": "District officials have not been involved in the implementation of refugee development programs.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti tebeetabiziddwa mu kuteeka mu nkola pulogulamu z'okukulaakulanya abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "District officials have laid plans aimed at ensuring rural transformation.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti bakoze enteekateeka eziruubiriddwamu okukyusa ebyalo." }, { "english": "The district lacks enough funds to implement developmental projects.", "luganda": "Disitulikiti teyina nsimbi zimala kuteeka mu nkola pulojekiti z'enkulaakulana." }, { "english": "The chief administrative officer has failed to ensure transparency in implementing refugee programs.", "luganda": "Akulira abakozi ba gavumenti mu disitulikiti alemereddwa okulaga obwerufu mu kuteekesa mu nkola pulogulaamu z'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "The district lacks enough funds to regulate its projects.", "luganda": "Disitulikiti telina ssente zimala kulondoola pulojekiti zaayo." }, { "english": "Refugees lack a stable water supply in the refugee camps.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu tebalina mazzi ga nkalakkalira mu nkambi z'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "How can we fight crime in society?", "luganda": "Tuyinza tutya okulwanyisa obumenyi bw'amateeka mu bitundu?" }, { "english": "Car theft is rampant these days.", "luganda": "Obubbi bw'emmotoka bungi nnyo ennaku zino" }, { "english": "Countries have entry points at the borders.", "luganda": "Amawanga gayina awayingirirwa ku nsalo." }, { "english": "Why are people's cars stolen?", "luganda": "Lwaki emmotoka z'abantu zibbibwa?" }, { "english": "We can easily identify a car by the help of its number plate.", "luganda": "Tuyinza okuzuula mangu emmotoka nga tusinziira ku nnamba puleeti yaayo." }, { "english": "Where is the source of inspiration for young women and men?", "luganda": "Ensibuko y'amaanyi g'abakazi n'abasajja abato eriwa?" }, { "english": "Some cultures limit women on what they should do.", "luganda": "Eby'obuwangwa ebimu bikugira abakyala okukola bye balina okukola." }, { "english": "As a result of education women have now risen to great positions of power.", "luganda": "Abakyala kati bali mu bifo eby'amaanyi eby'obukulembezi oluvannyuma lw'okusoma." }, { "english": "My sister graduated from university with a first-class degree.", "luganda": "Muganda wange omuwala yattikirwa okuva mu yunivaasite ne ddiiguli esooka." }, { "english": "Everyone can make a difference in life irrespective of their background.", "luganda": "Buli omu asobola okukola enjawulo mu bulamu nga tasinzidde ku buvo bwe." }, { "english": "Housewives dedicate most of their time for family.", "luganda": "Abakyala ababeera awaka bamalira obudde bwabwe obusinga ku bantu b'omu maka." }, { "english": "How is a typical rural setting like?", "luganda": "Obulamu bw'omukyalo obutuufu buli butya?" }, { "english": "My brother loves milking the cows.", "luganda": "Muganda wange omulenzi ayagala okukama ente." }, { "english": "We go to school to attain education.", "luganda": "Tugenda ku ssomero okufuna obuyigirize." }, { "english": "In the past some children would go to school barefooted.", "luganda": "Edda abaana abamu baagendanga ku ssomero mu bigere" }, { "english": "Garden crops are watered.", "luganda": "Ebimera by'omu nnimiro bufukirirwa amazzi" }, { "english": "Eating yesterday's leftovers may not be good for your health.", "luganda": "Okulya amwolu kiyinza obutabeera kirungi eri obulamu bwo." }, { "english": "There are different activities one can do to get money.", "luganda": "Eriyo ebintu eby'enjawulo omuntu by'ayinza okukola okufuna ssente." }, { "english": "Police arrested residents for their unlawful actions.", "luganda": "Poliisi yakutte abatuuze olw'ebikolwa byabwe eby'obumenyi bw'amateeka." }, { "english": "Sugar salt soap are some of the items commonly used in a homestead.", "luganda": "Sukaali omunnyo sabbuuni bye bimu ku bintu ebisinga okukozesebwa mu maka." }, { "english": "Sick patients need to be cared for.", "luganda": "Abalwadde beetaaga okulabirirwa." }, { "english": "A student's report card indicates their academic results.", "luganda": "Alipoota y'omuyizi eraga nga bw'asomye." }, { "english": "In almost every examination there those that pass and those that fail.", "luganda": "Mu buli kigezo mulimu abo abayita n'abo abagwa." }, { "english": "Some people academically excelled in school.", "luganda": "Abantu abamu baayita bulungi okusoma mu ssomero." }, { "english": "Usually the best students stand a chance of winning themselves scholarships.", "luganda": "Ebiseera ebisinga abayizi abasukkulumye baba n'omukisa ogw'okuwangula sikaala." }, { "english": "Wars are a hindrance to development.", "luganda": "Entalo ziziyiza enkulaakulana." }, { "english": "Elections initiate leaders into positions of power.", "luganda": "Okulonda kuteeka abakulembeze mu bifo by'obuyinza" }, { "english": "Wars often result in massive deaths of people.", "luganda": "Ebiseera ebisinga entalo zireetera abantu abangi okufa." }, { "english": "An attempt to kill yourself is not a solution.", "luganda": "Okugezaako okwetta si kye kigonjoola." }, { "english": "Most of the religions we have in Uganda were introduced by the missionaries.", "luganda": "Amaddiini agasinga mu Uganda gaaleetebwa baminsani." }, { "english": "The government of Uganda offers scholarships to students joining University.", "luganda": "Gavumenti ya Uganda egaba sikaala eri abo abayizi abeegatta ku ssettendekero." }, { "english": "Some graduates are lucky enough to get jobs soon after graduating.", "luganda": "Abatikiddwa abamu baba ba mukisa okufuna emirimu nga baakamala okuttikirwa." }, { "english": "One can switch work from one organisation to another.", "luganda": "Omuntu asobola okukyusa omulimu okuva mu kitongole ekimu okudda mu kirala." }, { "english": "The education journey continues even after your bachelor's degree.", "luganda": "Olugendo lw'obuyigirize lweyongerayo ne bwoba nga omaze ebbaluwayo ey'obuyigirize esooka." }, { "english": "Under what conditions can one get a promotion at work?", "luganda": "Mbeera ki omuntu gy'ayinza okukuzibwa ku mulimu?" }, { "english": "What are some of the roles played by the administration?", "luganda": "Mirimu ki egimu egikolebwa abakulembeze." }, { "english": "Some of the government officials in Uganda are just appointed into office.", "luganda": "Abakungu ba gavumenti abamu mu Uganda baweebwa buweebwa yafesi." }, { "english": "Dedicated people are most likely to get what they want.", "luganda": "Abantu abewaayo ebiseera ebisinga bafuna kye baagala." }, { "english": "The top-performing academics are awarded for their hard work.", "luganda": "Abasinga okusoma obulungi basiimibwa olw'okukola ennyo." }, { "english": "Wildlife attracts tourists into the country.", "luganda": "Ebisolo by'omu nsiko bisikiriza abalambuzi mu ggwanga" }, { "english": "Researchers professors and other experts write journals.", "luganda": "Abanoonyereza ba pulofeesa n'abakugu ablala bawandiika ebitabo." }, { "english": "Traffic police officers ensure efficiency on the roads.", "luganda": "Abasirikale b'ebidduka bakakasa nti wabaawo enkozesa y'oluguudo ennungi." }, { "english": "Traffic regulations are available to guide road users.", "luganda": "Amateeka g'enguudo weegali okulungamya abakozesa enguudo." }, { "english": "Every motorcyclist and car driver must have a driving permit.", "luganda": "Buli muvuzi wa piki piki oba emmotoka ateekwa okubeera n'ekiwandiiko ekimukkiriza okuvuga." }, { "english": "Motorcycle riders are encouraged to wear a helmet while on the road.", "luganda": "Abavuzi ba piki piki bakubirizibwa okwambala elementi nga bali ku luguudo" }, { "english": "Penalty tickets are issued to those that have disobeyed traffic regulations.", "luganda": "Ababeera bajeemedde amateeka g'enguudo baweebwa tiketi z'okusasula." }, { "english": "Uganda Revenue Authority is in charge of collecting tax revenue in Uganda.", "luganda": "Ekitongole kya Uganda Revenue Authority kye kikungaanya emisolo mu Uganda." }, { "english": "We wrote a statement at the police station after the theft incident.", "luganda": "Twawandiika sitaatimenti ku poliisi oluvannyuma lw'okubbiwa." }, { "english": "All road users must obey traffic regulations.", "luganda": "Buli akozesa oluguudo ateekwa okugondera amateeka g'ebyentambula." }, { "english": "Drivers and other road users should avoid overspeeding.", "luganda": "Abavuzi n'abantu abalala abakozesa enguudo bateekeddwa okwewala okuvuga endiima." }, { "english": "For a school to operate legally it must have a license.", "luganda": "Essomero okukolera mu mateeta lirina okuba ne layisinsi." }, { "english": "Unlicensed schools shall be closed.", "luganda": "Amasomero agatalina lukisa kukola galina okuggalwa." }, { "english": "We have international schools in Uganda.", "luganda": "Tulina amasomero agali ku mutendera gw'ensi yonna mu Uganda" }, { "english": "The ministry of education authorises the national curriculum for schools in Uganda.", "luganda": "Minisitule y'ebyenjigiriza ekkiriza ensengeka y'amasomo mu masomero mu Uganda." }, { "english": "Children have a right to education.", "luganda": "Abaana balina obuweebwa okusoma." }, { "english": "Police act to any form of rebellion and violence.", "luganda": "Poliisi ekola ku bujagalalo n'obutabanguko obw'engeri yonna." }, { "english": "What causes hostility in people?", "luganda": "Ki ekireeta ebikolwa by'obukyayi mu bantu?" }, { "english": "There standards that schools should meet to operate successfully.", "luganda": "Waliwo ebisaanyizo amasomero bye gateekwa okuba nabyo okusobola okuddukanyizibwa obulungi." }, { "english": "The curriculum is essential for the education sector.", "luganda": "Ensengeka y'amasomo ya mugaso mu kisaawe ky'ebyenjigiriza." }, { "english": "A letter of notice gives information about something.", "luganda": "Ebbaluwa y'okulabula ewa obubaka obukwata ku kintu." }, { "english": "Computer usage is one of the lessons taught in schools these days.", "luganda": "Enkozesa ya kompyuta ge gamu ku masomo agasomesebwa ensangi zino." }, { "english": "Students that pass exams are promoted to the next class.", "luganda": "Abayizi abayita ebibuuzo batwalibwa mu kibiina ekiddako." }, { "english": "Teachers follow a given syllabus while teaching.", "luganda": "Abasomesa bagoberera enteekateeka y'amasomo eriwo nga basomesa." }, { "english": "Some schools were forced to cease operation.", "luganda": "Amasomero agamu gaakakibwa okukomya okusomesa." }, { "english": "A headmaster heads the school.", "luganda": "Omukulu w'essomero akulira essomero." }, { "english": "Some students dodge classroom lessons.", "luganda": "Abayizi abamu bewala okusoma amasomo g'ebibiina." }, { "english": "Police vehicles help them in deployment.", "luganda": "Emmotoka za poliisi zibayamba mu kutwalibwa we bannaakolera." }, { "english": "Pit latrines should be properly maintained and located.", "luganda": "Kabuyonjo ziteekeddwa okulabirirwa obulungi n'okuteekebwa mu bifo ebituufu." }, { "english": "What causes buildings to collapse?", "luganda": "Ki ekireetera ebizimbe okugwa?" }, { "english": "Some schools continue to operate without a license.", "luganda": "Amasomero agamu gagenda mumaaso n'okusomesa nga tegalina bisaanyizo." }, { "english": "What procedures does one have to go through to get a license?", "luganda": "Mitendera ki omuntu gy'ayina okuyitamu okufuna layisinsi." }, { "english": "Government-aided schools provide good education services.", "luganda": "Amasomero ga gavumenti gasomesa bulungi." }, { "english": "Government aided schools are supported and financed by the government.", "luganda": "Amasomero ga gavumenti gayambibwa n'okuteekebwamu ssente gavumenti." }, { "english": "An operating license legally permits anyone to carry out any activities.", "luganda": "Layisinsi mu matteeka ekkiriza omuntu okukola omulimu gwonna." }, { "english": "Anglicans believe in God.", "luganda": "Ab'agirikaani bakkiririza mu Katonda." }, { "english": "Why would the diocese be split?", "luganda": "Lwaki obulabirizi bwawulwamu?" }, { "english": "Who is behind the idea of splitting the diocese?", "luganda": "Ani ali emabega w'ekirowoozo ky'okwawulamu obulabirizi." }, { "english": "It is the role of the secretary to record minutes of the meeting.", "luganda": "Mulimu gwa muwandiisi okuwandiika ebiri mu lukiiko." }, { "english": "Some churches are administratively managed.", "luganda": "Amakanisa agamu galina obukulembeze obunyweevu." }, { "english": "Christians go to church on Sunday for prayers.", "luganda": "Abakulisitu bagenda ku kkanisa ku sande okusaba." }, { "english": "The bishop usually delegates certain responsibilities to the archdeacon.", "luganda": "Omulabirizi ebiseera ebisinga asigira emirimu gye eri saabadinkoni." }, { "english": "Dreams can be realised.", "luganda": "Ebirooto bisobola okutuukirira." }, { "english": "Communication is essential.", "luganda": "Okuwuliziganya kwa mugaso." }, { "english": "We can now access a lot of information via the internet.", "luganda": "Tusobola kati okufuna obubaka bungi nga tukozesa yintaneeti" }, { "english": "How can effective communication be established?", "luganda": "Empuliziganya ennungi eyinza kutandikibwawo etya?" }, { "english": "Both the bishop and archbishop serve in the church.", "luganda": "Omulabirizi ne saabalabirizi bombi baweereza mu kkanisa." }, { "english": "How long has the diocese been in existence in Uganda?", "luganda": "Obulabirizi mu Uganda bumazeewo bbanga ki?" }, { "english": "The bishop is responsible for the Anglican church.", "luganda": "Omulabirizi avunaanyizibwa ku kkanisa y'abangirikaani." }, { "english": "In Uganda there is freedom of worship.", "luganda": "Mu Uganda mulimu eddembe ly'okusinza." }, { "english": "When people get married they form a family.", "luganda": "Abantu bwe bafumbiriganwa bakola amaka" }, { "english": "Investments usually yield returns.", "luganda": "Okusiga ensimbi bulijjo kuleeta amagoba." }, { "english": "The bishop must approve any kind of church contributions.", "luganda": "Omulabirizi alina okukakasa obuyambi bw'ekkanisa" }, { "english": "Schools are inspected to see whether they meet education standards.", "luganda": "Amasomero galambulwa okukakasa nti gali ku mutindo gw'ebyenjigiriza." }, { "english": "Church land should not be encroached on.", "luganda": "Ettaka ly'ekkanisa teriteekeddwa kwesenzebwako." }, { "english": "Most landowners have land titles.", "luganda": "Bannannyini ttaka abasinga balina epyaapa." }, { "english": "Christians believe that Jesus Christ is the son of God.", "luganda": "Abakulisitu bakkiriza nti Yeesu mwana wa Katonda." }, { "english": "Let each one of us plant a tree in his or her compound.", "luganda": "Buli muntu yenna asimbe omuti mu lugya lwe" }, { "english": "Trees make the compound look green and beautiful.", "luganda": "Emiti girabisa olugya okuba nga lwa kiragala ate nga lulungi" }, { "english": "Members of the congregation strongly believe in their pastors.", "luganda": "Abagoberezi bakkiririza nnyo mu basumba baabwe." }, { "english": "In Uganda we have church founded schools.", "luganda": "Mu Uganda tulina amasomero agali ku musingi gw'ekkanisa." }, { "english": "More employees were recruited.", "luganda": "Abakozi abalala bawandiisibwa." }, { "english": "He served us selflessly during his term of office.", "luganda": "Yatuweereza nga teyebalirira mu kiseera ky'ekisanja kye." }, { "english": "Efforts to support refugees are being undertaken.", "luganda": "Kaweefube okuyamba abanoonyiboobubudamu agenda maaso." }, { "english": "Religious leaders always appreciate the donations people make.", "luganda": "Abakulembeze b'eddiini bulijjo basiima obuyambi abantu bwe bawaayo." }, { "english": "They donated food to the needy.", "luganda": "Bawaayo emmere eri abetaavu." }, { "english": "The water has not yet been purified.", "luganda": "Amazzi tegannasengejjebwa." }, { "english": "Many people can not afford basic needs.", "luganda": "Abantu bangi tebasobola kwetusaako byetaago bikulu." }, { "english": "More money has been allocated to disaster preparedness.", "luganda": "Ssente endala ziweereddwayo ku kwetegekera ebibamba." }, { "english": "Uganda houses very many refugees.", "luganda": "Uganda ebudamya abanoonyiboobubudamu bangi." }, { "english": "There was a national blackout.", "luganda": "Waaliwo eggwanga lyonna nga teriyina masannyalaze." }, { "english": "We need to resort to renewable sources of energy.", "luganda": "Twetaaga okudda ku kukozesa amasannyalaze g'obutonde." }, { "english": "This is a dry season.", "luganda": "Bino ebiseera bya musana." }, { "english": "There is an intermittent power supply in Uganda.", "luganda": "Waliwo okuvavaako kw'amasannyalaze mu Uganda." }, { "english": "We can not rely on only one supplier.", "luganda": "Tetusobola kwesigama ku atugabula omu." }, { "english": "We have not had electricity for three days now.", "luganda": "Tetubadde na masannyalaze okumala ennaku satu." }, { "english": "They complained about the insufficient power supply.", "luganda": "Baakayana ku masannyalaze amatono." }, { "english": "Measures are being taken to improve the power supply in Uganda.", "luganda": "Enteekateeka zikolebwa okutumbula ku nsaasaanya y'amasannyalaze mu ggwanga." }, { "english": "There is a lot of wastage of electricity in Uganda.", "luganda": "Waliwo okwonoona kw'amasannyalaze mu Uganda." }, { "english": "People use electricity for cooking.", "luganda": "Abantu bakozesa amasannyalaze okufumba." }, { "english": "Some transformers need to be serviced.", "luganda": "Tulansifooma zetaaga okudaabirizibwa." }, { "english": "The entire power line needs to be serviced.", "luganda": "Omukutu gw'amasannyalaze gwonna gwetaaga okudaabirizibwa." }, { "english": "The fire was caused by electricity.", "luganda": "Omuliro gwavudde ku masannyalaze" }, { "english": "The whole region has no electricity.", "luganda": "Ekitundu kyonna tekirina masannyalaze." }, { "english": "We hope to have electricity again.", "luganda": "Tusuubira okuddamu okuba n'amasannyalaze." }, { "english": "Electricity is generated from running water.", "luganda": "Amasannyalaze gakolebwa mu mazzi agakulukuta" }, { "english": "We need money to extend electricity to remote areas.", "luganda": "Twetaaga ssente okuteeka amasannyalaze mu byalo." }, { "english": "They received more money.", "luganda": "Baafunye ssente endala." }, { "english": "The president promised access to electricity throughout the country.", "luganda": "Omukulembeze yasuubiza okubunisa amasannyalaze mu ggwanga lyonna." }, { "english": "The chairman did not attend the event.", "luganda": "Ssentebe teyetabye ku mukolo." }, { "english": "All the staff members agreed to go on strike for five days.", "luganda": "Abakozi bonna baasazeewo okwediima okumala ennaku ttaano." }, { "english": "All the absentees were recorded.", "luganda": "Abatazze bonna baabawandiise." }, { "english": "Only the top administrators were invited to the conference.", "luganda": "Abakulembeze abawaggulu bokka beebayitiddwa ku mukolo." }, { "english": "All projects were closely monitored.", "luganda": "Pulojekiti zonna zaali zirondoolwa nnyo." }, { "english": "All people were disappointed in her.", "luganda": "Yamazeemu abantu bonna amaanyi." }, { "english": "Leaders disappointed their voters.", "luganda": "Abakulembeze baamazeemu abalonzi baabwe amaanyi." }, { "english": "There are very many corrupt officials.", "luganda": "Waliwo abakungu bangi abali b'enguzi." }, { "english": "Many workers did not turn up for the workshop.", "luganda": "Abakozi bangi tebazze mu musomo." }, { "english": "No one knows why some workers were laid off.", "luganda": "Teri amanyi lwaki abakozi abamu baagobeddwa." }, { "english": "The campaign rallies were violent.", "luganda": "Kakuyege yabadde wa buvuyo." }, { "english": "The roads have many potholes.", "luganda": "Enguudo zirimu ebinnya bingi." }, { "english": "The director was requested to call for a meeting.", "luganda": "Dayirekita yasabiddwa okuyita olukiiko." }, { "english": "He did not fulfill his manifesto.", "luganda": "Teyatuukirizza bweyamu obuwandiike." }, { "english": "They have tarmacked that road today.", "luganda": "Oluguudo luyiiriddwa kolansi leero." }, { "english": "The vendors were very happy about the renovation of the market.", "luganda": "Abasuubuzi baabadde basanyufu olw'okuddaabirizibwa kw'akatale." }, { "english": "Most of the funding was allocated to agriculture.", "luganda": "Okuvujjirira okusinga kwaweereddwa eri obulimi n'obulunzi" }, { "english": "This is the busiest market in Uganda.", "luganda": "Kano ke katale akasinga okubeera n'emirimu Uganda" }, { "english": "We are in the final phase of the project.", "luganda": "Tuli ku mutendera ogusembayo ogwa pulojekiti." }, { "english": "Very many people benefited from the project.", "luganda": "Abantu bangi baaganyuddwa okuva mu pulojekiti." }, { "english": "The government has not yet responded.", "luganda": "Gavumenti tennayanukula." }, { "english": "There are very many market vendors.", "luganda": "Waliwo abakozi b'omukatale bangi." }, { "english": "The market is really congested.", "luganda": "Akatale kajlina omujjuzo mungi." }, { "english": "The market vendors said they had many challenges.", "luganda": "Abakozi b'omukatale baagambye baabadde n'okusoomozebwa kungi." }, { "english": "The market got burnt.", "luganda": "Akatale kaakutte omuliro." }, { "english": "The vendors have no access to clean water.", "luganda": "Abasuubuzi tebasobola kufuna mazzi mayonjo." }, { "english": "There is a need to expand the market.", "luganda": "Waliwo obwetaavu bw'okugaziya akatale." }, { "english": "The market was cleaned.", "luganda": "Akatale kaalongoseddwa." }, { "english": "Ugandans are always happy when they see white people.", "luganda": "Bannayuganda bulijjo babeera basanyufu nga balabye bakyeruppe." }, { "english": "Heis father was murdered.", "luganda": "Taata we yatemulwa." }, { "english": "He died yesterday morning.", "luganda": "Yafudde ggulo ku makya." }, { "english": "He will be buried tomorrow.", "luganda": "Ajja kuziikibwa enkya." }, { "english": "Over fifty people were shot with bullets in the November riots.", "luganda": "Abantu abasoba mu makumi ataano baakubwa amasasi mu bwegugungo mu museenene." }, { "english": "The mob was very violent.", "luganda": "Abantu baabadde beekyaye." }, { "english": "He lost his identity card.", "luganda": "Yabuzizza ndaga muntu ye." }, { "english": "Mob justice is condemned.", "luganda": "Okutwalira amateeka mu ngalo kuvumirirwa." }, { "english": "We should always be peaceful.", "luganda": "Tulina okuba ab'eddembe buli kiseera." }, { "english": "We need to take care of ourselves.", "luganda": "Twetaaga okwerabirira." }, { "english": "The police ensure that every Ugandan keeps law and order.", "luganda": "Poliisi erina okukaksa nti buli munnayuganda akuuma amateeka n'obutebenkevu." }, { "english": "They were advised to settle the disputes.", "luganda": "Baaweereddwa amagezi okugonjoola ensonga." }, { "english": "Many people were robbed last night.", "luganda": "Abantu bagii babiddwa ekiro kya jjo." }, { "english": "The thieves were arrested.", "luganda": "Ababbi baakwatiddwa." }, { "english": "The congregation had many Congolese.", "luganda": "Olukungaana lw'abaddemu abakongo bangi." }, { "english": "His car was stolen.", "luganda": "Emmotoka ye yabbiddwa." }, { "english": "They reported the case to the village chairman.", "luganda": "Baaloopye omusango ewa ssentebe w'ekyalo" }, { "english": "My father bought a new car.", "luganda": "Taata wange yagula emmotoka endala." }, { "english": "They bought more cars today.", "luganda": "Baaguze emmotoka endala leero." }, { "english": "People should be sensitized about the penalties of theft.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okusomesebwa ku mpeera y'obubbi." }, { "english": "Security in towns and villages needs to improve.", "luganda": "Ebyokwerinda mu bibuga ne mu byalo bisaana okulongooka." }, { "english": "All thieves should be reported to police.", "luganda": "Ababbi bonna bateekeddwa okuloopebwa ku poliisi." }, { "english": "The thieves were sentenced to death.", "luganda": "Ababbi baasalibwa gwa kufa." }, { "english": "Human trafficking has increased.", "luganda": "Okukukusa abantu kweyongedde." }, { "english": "Investigations about the stolen cars are still ongoing.", "luganda": "Okunoonyereza ku mmotoka enzibe kukyagenda mu maaso." }, { "english": "Many people turned up for the meeting.", "luganda": "Abantu bangi bajja mu lukiiko." }, { "english": "People's cars were stolen.", "luganda": "Emmotoka z'abantu zabbibwa." }, { "english": "We have access to clean water.", "luganda": "Tuyina amazzi amayonjo." }, { "english": "The water standards were approved by the National bureau of Standards.", "luganda": "Omutindo gw'amazzi gwa kakasibwa ekitongole kya National bureau of Standards." }, { "english": "People should maintain personal hygiene.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okukuuma obuyonjo bw'omubiri." }, { "english": "The project has finally been funded.", "luganda": "Pulojekiti emaze n'evvujjirirwa." }, { "english": "The laboratory test results are not yet out.", "luganda": "Ebiva mu kukeberwa tebinnafuluma." }, { "english": "The hospitals need more testing equipment.", "luganda": "Amalwaliro getaaga ebikozesebwa mu kukebera." }, { "english": "Drinking unclean water causes water borne diseases.", "luganda": "Okunywa amazzi agatali mayonjo kulwaza endwadde ezikwatira mu mazzi." }, { "english": "Typhoid can cause death.", "luganda": "Omusujja gw'ekiddukano guviirako okufa." }, { "english": "Refugees have access to health facilities.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu balina amalwaliro" }, { "english": "Some boreholes need maintenance work.", "luganda": "Nayikondo ezimu zetaaga okuddaabirizibwa." }, { "english": "We do not have access to clean water.", "luganda": "Tetuyina mazzi mayonjo" }, { "english": "They are suffering from typhoid.", "luganda": "Baalwadde bulwadde bw'omusujja gw'omubyenda." }, { "english": "More laboratory equipment has been purchased for the hospital.", "luganda": "Ebikozesebwa mu laabu ebirala biguliddwa eddwaliro." }, { "english": "Refugees should feel at home.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu bateekeddwa okubeera obulungi." }, { "english": "Refugee camps have been constructed.", "luganda": "Enkambi z'abanoonyiboobubudamu zizimbiddwa." }, { "english": "Some people fetch water from wells.", "luganda": "Abantu abamu bakima ku luzzi amazzi." }, { "english": "Other people fetched water from the lake.", "luganda": "Abantu abalala baakima amazzi okuva ku nnyanja." }, { "english": "The sermon was very touching.", "luganda": "Ekyawandiikibwa kyali kikwata nnyo ku mitima." }, { "english": "He preached about the love God has for man.", "luganda": "Yabuulirira ku kwagala Katonda kw'alina eri omuntu" }, { "english": "They made outreach to all prisons.", "luganda": "Baakibunyisa obuyambi okwetooloola amakomera gonna" }, { "english": "The guest house was constructed last year.", "luganda": "Ennyumba esulwamu abagenyi yazimbibwa mwaka guwedde" }, { "english": "My mother is expectant.", "luganda": "Maama wange anaatera okuzaala." }, { "english": "There is an ongoing football competition.", "luganda": "Waliwo empaka z'omupiira gw'ebigere ezizannyibwa." }, { "english": "Many religious leaders attended the event.", "luganda": "Omukolo gwetabwako bannaddiini bangi." }, { "english": "The first half of the match is almost ending.", "luganda": "Ekitundu ky'omuzannyo ekisooka kinaatera okukomekkerezebwa." }, { "english": "Some players did not come for football training.", "luganda": "Abazannyi abamu tebajja mu kutendekebwa kwa mupiira ogw'ebigere." }, { "english": "My team hopes to win the match.", "luganda": "Ttiimu yange esuubira okuwangula omuzannyo." }, { "english": "He was injured during the second half of the match.", "luganda": "Yafuna obuvune mu kitundu ky'omuzannyo ekyokubiri" }, { "english": "The team lost several matches.", "luganda": "Ttiimu yasuula emizannyo eziwerako." }, { "english": "They were the winners of the netball trophy.", "luganda": "Baawangula ekikopo ky'omuzannyo gw'okubaka emirundi egiwera." }, { "english": "Our team is composed of players from all regions.", "luganda": "Ttiimu yaffe ekolebwa abazannyi okuva mu nzikiriza zonna." }, { "english": "Most players on the team live in Northern Uganda.", "luganda": "Abazannyi abasinga mu ttiimu bava mu bukiikaddyo bwa Uuganda." }, { "english": "Other players live in Kampala.", "luganda": "Abazannyi abalala babeera Kampala." }, { "english": "They elected new regional leaders.", "luganda": "Baalonda abakulembeze b'ebitundu abaggya." }, { "english": "The committee members had a meeting.", "luganda": "Abatuula ku kakiiko k'oku ntikko baalina akakiiko." }, { "english": "Leaders should be requested to account for the funds they received.", "luganda": "Abakulembeze balina okusabibwa okuwa embalirira y'ebintu ebibaweebwa." }, { "english": "He is involved in multiple projects.", "luganda": "Yeenyigira mu pulojekiti ez'enjawulo." }, { "english": "The president shared his objectives during the term of office.", "luganda": "Pulezidenti yalambika ebigendererwa bye mu kisanja kye." }, { "english": "Arua has the largest number of refugee camps.", "luganda": "Arua y'esingamu enkambi z'abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "He did not meet my expectations.", "luganda": "Teyatuukiriza bye nali mmusuubiramu." }, { "english": "The road was tarmacked.", "luganda": "Ekkubo lyayiibwa kkoolaasi." }, { "english": "The government is accountable to the public.", "luganda": "Gavumenti evunaanyizibwa ku bantu." }, { "english": "There is a need to construct a hospital in my village.", "luganda": "Waliwo obwetaavu bw'okuzimba eddwaliro mu kyalo gye nva." }, { "english": "We are following up on the issue.", "luganda": "Ensonga tugigoberera." }, { "english": "Students are the main beneficiaries of the project.", "luganda": "Abayizi be basinga okuganyulwa mu pulojekiti." }, { "english": "People face many challenges everyday.", "luganda": "Abantu basanga ebibasoomooza bingi buli lunaku." }, { "english": "They migrated with their cattle.", "luganda": "Baasenguka n'ente zaabwe." }, { "english": "Pastoralists complained about being neglected.", "luganda": "Abalunzi beemulugunya olw'obutafiibwako." }, { "english": "Many ministers attended the event.", "luganda": "Baminisita bangi beetaba ku mukolo." }, { "english": "The pastoralists were very unhappy.", "luganda": "Abalunzi tebaali basanyufu n'akamu." }, { "english": "The president agreed to help pastoralists.", "luganda": "Pulezidenti yakkiriza okuyamba abalunzi." }, { "english": "They complained until they got what they wanted.", "luganda": "Beemulugunya okutuusa lwe baafuna kye baali baagala." }, { "english": "Their complaints paid off.", "luganda": "Okwemulugunya kwabwe kwavaamu ebibala." }, { "english": "The cattle do not belong to him.", "luganda": "Ente si zize." }, { "english": "There are many immigrants in Uganda.", "luganda": "Abasenze bangi mu Uganda." }, { "english": "The postponed the deadline.", "luganda": "Baayongezaayo ssalessale." }, { "english": "They were sensitized about animal diseases.", "luganda": "Baamanyisibwa ku ndwadde z'ebisolo." }, { "english": "The animals were evicted.", "luganda": "Ebisolo byasengulwa." }, { "english": "The workers were harassed.", "luganda": "Abakozi baakulusanyizibwa." }, { "english": "We are advised to be kind to each other.", "luganda": "Tukubirizibwa okuba ab'ekisa eri abalala." }, { "english": "They went to the village.", "luganda": "Baagenda mu kyalo." }, { "english": "They are researching the disease.", "luganda": "Banoonyereza ku bulwadde." }, { "english": "The patients were given their test results.", "luganda": "Abalwadde baaweebwa ebyava mu kukeberebwa." }, { "english": "There is a malaria outbreak in Uganda.", "luganda": "Waliwo okubaluka kw'omusujja gw'ensiri mu Uganda." }, { "english": "The infected people are being treated.", "luganda": "Abalwadde bajjanjabibwa." }, { "english": "Many people died of malaria.", "luganda": "Abantu bangi baafa omusujja gw'ensiri." }, { "english": "The cause of the disease is still unknown.", "luganda": "Ekiviirako obulwadde tekinnategeerekeka." }, { "english": "Many animals died yesterday.", "luganda": "Ebisolo bingi byafudde eggulo." }, { "english": "The animals were buried.", "luganda": "Ebisolo byaziikiddwa." }, { "english": "Anthrax affects animals as well.", "luganda": "Kalusu naye atawaanya ebisolo." }, { "english": "Some animals only feed on grass.", "luganda": "Ebisolo ebimu birya muddo gwokka" }, { "english": "Many animals died of anthrax.", "luganda": "Ebisolo bingi byafa kalusu." }, { "english": "The animals will be vaccinated tomorrow.", "luganda": "Ebisolo bijja kugemebwa nkya." }, { "english": "There was disorder in the church.", "luganda": "Waaliwo okukyankalana mu kkanisa." }, { "english": "The chairman has been impeached.", "luganda": "Ssentebe agguddwako omusango." }, { "english": "They were sent to court.", "luganda": "Baasindikibwa mu kkooti." }, { "english": "He was asked to defend himself.", "luganda": "Yasabibwa okwewozaako." }, { "english": "He failed to defend himself.", "luganda": "Yalemererwa okwewozaako." }, { "english": "The hall was locked.", "luganda": "Ekifo kyali kiggale." }, { "english": "They did not communicate about the meeting time.", "luganda": "Tebaategeeza ku budde bwa kusisinkanirako." }, { "english": "The venue of the meeting has not been communicated.", "luganda": "Ekifo ky'olukiiko tekirangiriddwa." }, { "english": "The vice-chairperson chaired the meeting.", "luganda": "Omumyuka was Ssentebe yakubirizza olukiiko." }, { "english": "He was not impeached.", "luganda": "Teyavunaanibwa." }, { "english": "Everyone wanted him to be impeached.", "luganda": "Buli omu yali ayagala avunaanibwe." }, { "english": "I want to start a business after working for five years.", "luganda": "Njagala okutandikawo bizinensi oluvannyuma lw'okukolera emyaka etaano." }, { "english": "The meeting venue has been communicated.", "luganda": "Ekifo ky'okusisinkanamu kirangiriddwa." }, { "english": "He was requested to sign in the visitors' book.", "luganda": "Yasabibwa okuteeka omukono mu kitabo ky'abagenyi." }, { "english": "There was a fight yesterday.", "luganda": "Waabaddewo okulwanagana eggulo." }, { "english": "People were very hungry.", "luganda": "Abantu baabadde bayala nnyo." }, { "english": "The meeting has not yet begun.", "luganda": "Olukiiko terunnatandika." }, { "english": "His speech was very interesting.", "luganda": "Okwogera kwe kwabadde kunyuvu." }, { "english": "The manager laid off all his workers.", "luganda": "Omukulu yagobye abakozi be bonna." }, { "english": "He was denied access to his office.", "luganda": "Yabadde agaaniddwa okutuuka mu woofiisi ye." }, { "english": "All his company contacts were blocked.", "luganda": "Emikutu gya kampuni ye gyonna gyali giggaddwa." }, { "english": "He accepted to stop working.", "luganda": "Yakkirizza okulekera awo okukola." }, { "english": "I was unhappy about my suspension from work.", "luganda": "Ssaali musanyufu n'okuyimirizibwa kwange ku mulimu." }, { "english": "More money has been invested in farming.", "luganda": "Ssente endala ziteekeddwa mu byobulimi n'obulunzi." }, { "english": "Refugees should be empowered.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu balina okuweebwa eddembe." }, { "english": "Agricultural projects will be funded.", "luganda": "Pulojekiti z'obulimi zijja kuteekebwamu obuyambi." }, { "english": "The workshop was held last week.", "luganda": "Omusomo gwaliyo wiiki ewedde." }, { "english": "Muni University has organised a students' workshop.", "luganda": "Ssettendekero y'e Muni etegese omusomo gw'abayizi." }, { "english": "Farmers need to be guided.", "luganda": "Abalimi beetaaga okulungamizibwa." }, { "english": "More land has been provided for farmers.", "luganda": "Abalimi baweereddwa ettaka eddala." }, { "english": "There are very many refugees.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu bangi nnyo." }, { "english": "Cash crops are very profitable.", "luganda": "Ebirime ebivaamu ensimbi biriko nnyo amagoba." }, { "english": "More trees have been planted.", "luganda": "Emiti mingi gisimbiddwa." }, { "english": "They planted more trees.", "luganda": "Baasimba emiti emirala." }, { "english": "The farmers purchased more seedlings.", "luganda": "Abalimi baagula endokwa endala." }, { "english": "He advised the farmers to practise mixed farming.", "luganda": "Yakubiriza abalimi okulima ebirime eby'enjawulo awamu." }, { "english": "Farmers made good harvests this year.", "luganda": "Abalimi baakungudde bulungi omwaka guno." }, { "english": "Refugees were advised to practice farming.", "luganda": "Abanoonyiboobubudmu baaweebwa amagezi okwettanira ebyobulimi." }, { "english": "They invested more money in poultry farming.", "luganda": "Baatadde ssente nnyingi mu kulunda enkoko." }, { "english": "The project commenced last month.", "luganda": "Pulojekiti yatandika omwezi oguwedde" }, { "english": "Farmers were advised to start sowing since it is a rainy season.", "luganda": "Abalimi baaweebwa amagezi okutandika okusiga kubanga kiseera kya nkuba." }, { "english": "The football league started today.", "luganda": "Liigi y'omupiira gw'ebigere zitandise leero." }, { "english": "The team suspended its coach.", "luganda": "Ttiimu eyimirizza omutendesi waayo." }, { "english": "The team was disappointed after the home loss.", "luganda": "Ttiimu yennyamidde olw'okuwangulwa mu maka gaayo." }, { "english": "A winning football team makes its supporters happy.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira ewangula esanyusa abawagizi baayo." }, { "english": "The new team manager is determined to win this year's trophy.", "luganda": "Omutendesi wa ttiimu omuggya mumalirivu okuwangula ekikopo ky'omwaka guno." }, { "english": "The team didn't perform well in the previous season.", "luganda": "Ttiimu teyakola bulungi sizoni ewedde." }, { "english": "Most football teams have signed new players to improve on their performance.", "luganda": "Ttiimu ezisinga zifunye abazannyi abaggya okusobola okwongera ku mutindo gwazo." }, { "english": "Uganda has many groups of people speaking different languages.", "luganda": "Uganda erina ebibinja by'abantu aboogera ennimi ez'enjawulo." }, { "english": "Cultural leaders organise cultural exhibitions annually.", "luganda": "Abakulembeze b'ennono bategeka emyoleso gy'obuwangwa buli mwaka." }, { "english": "Culture shapes people's behaviours in the community.", "luganda": "Obuwangwa butereeza enneeyisa y'abantu mu kitundu." }, { "english": "It is a good thing for someone to know more than one language.", "luganda": "Kintu kirungi omuntu okumanya ennimi ez'enjawulo." }, { "english": "Parents should teach girls how to prepare their cultural food.", "luganda": "Abazadde bateekeddwa okusomesa abaana abawala engeri y'okufumba emmere ennansi." }, { "english": "Local languages are one of the best-performed subjects in schools today.", "luganda": "Ennimi ennansi ge masomo agasinga okukolebwa obulungi mu masomero." }, { "english": "Church leaders planted over two hundred trees in our area.", "luganda": "Abakulembeze b'ekkanisa baasimbye emiti egisukka mu bikumi ebibiri mu kitundu kyaffe." }, { "english": "Cultural music has a lot of educational messages.", "luganda": "Ennyimba ez'obuwangwa zirimu obubaka bungi obuyigiriza." }, { "english": "Uganda has exciting cultural dances performed by different tribes.", "luganda": "Uganda erina amazina g'obuwangwa aganyuma agazinibwa amawanga ag'enjawulo." }, { "english": "Our cultural music attracts tourists from different countries to Uganda annually.", "luganda": "Ennyimba zaffe ez'obuwangwa zisikiriza abalambuzi okuva mu nsi ez'enjawulo buli mwaka." }, { "english": "A lot of talent was displayed by different people that day.", "luganda": "Ebitone bingi byayolesebwa abantu ab'enjawulo olunaku olwo." }, { "english": "The visitors praised our various traditional foods they tasted.", "luganda": "Abagenyi baatenda emmere yaffe enansi ey'enjawulo gye baalyako." }, { "english": "Culture doesn't exclude age: young and old attended the music festival.", "luganda": "Obuwangwa tebusosola myaka: abato n'abakulu beetaba mu bikujjuko by'ennyimba." }, { "english": "Old people have a stronger belief in traditional culture than the young.", "luganda": "Abantu abakulu bakkiririzza nnyo mu byobuwangwa okusinga abato." }, { "english": "Everyone who attended the event ate food until they were satisfied.", "luganda": "Buli muntu eyeetabye ku mukolo yalidde emmere okutuuka lwe yakkuse." }, { "english": "Most traditional musical instruments are made from tree stems and animal skins.", "luganda": "Ebivuga ebyobuwangwa ebisinga bikolebwa mu nduli za miti n'amaliba g'ebisolo." }, { "english": "There are a few musicians in Uganda with a traditional voice tone.", "luganda": "Waliwo abayimbi batono mu Uganda abasobola okuyimba mu ddoboozi ery'ekinnansi." }, { "english": "The local music groups presented many items compared to the visiting teams.", "luganda": "Ebibinja by'abayimbi ebizaaliranwa byayolesa ebintu bingi okusinga abaakyala." }, { "english": "Every culture in Uganda in Uganda has its own dressing code.", "luganda": "Buli buwangwa mu Uganda buyina enyambala yabwo." }, { "english": "One of the local contestants performed five songs in one stage appearance.", "luganda": "Omu ku bayimbi abazaaliranwa yayimba ennyimba ttaano ku siteegi omulundi gumu nga tavuddeeko." }, { "english": "It is natural for people to appreciate their cultures better than other cultures.", "luganda": "Kya butonde abantu okwagala obuwangwa bwabwe okusinga obuwangwa obulala." }, { "english": "The Ugandan music industry has a variety of music styles.", "luganda": "Okuyimba mu Uganda kulimu engeri z'okuyimba ez'enjawulo." }, { "english": "Parents sponsor their children to learn various western musical instruments.", "luganda": "Abazadde bateekamu baana baabwe ensimbi okusoma ebivuga by'abazungu eby'enjawulo." }, { "english": "Many whites have learnt how to play our traditional musical instruments.", "luganda": "Abeeru bangi bayize okuzannya ebivuga byaffe binnansangwa eby'enjawulo." }, { "english": "Various Ugandan musicians have done shows in different countries.", "luganda": "Abayimbi bannayuganda bangi bakoze ebivvulu mu mawanga ag'enjawulo." }, { "english": "The rate of criminal cases has greatly increased in the district.", "luganda": "Obumenyi bw'amateeka bweyongedde nnyo mu disitulikiti." }, { "english": "Police have arrested a man for stealing his neighbour's cow.", "luganda": "Poliisi ekutte omusajja lwa kubba nte ya muliraanwa we." }, { "english": "Thieves attack many people on their way home.", "luganda": "Ababbi balumba abantu bangi nga badda ewaabwe." }, { "english": "Police have played a big role in reducing the crime rate in the country.", "luganda": "Poliisi ekoze omulimu munene okukendeeza obuzzi bw'emisango mu ggwanga." }, { "english": "But where do thieves get the guns they use in their operations?", "luganda": "Naye ababbi baggya wa emmundu ze bakozesa mu kubba?" }, { "english": "Our chairman is suspected to be behind a certain group of thieves in our area.", "luganda": "Ssentebe waffe ateeberezebwa okuba emabega w'ekibinja ky'ababbi ekimu mu kitundu kyaffe." }, { "english": "It is so worrying that the majority of criminals are youths.", "luganda": "Kyeraliikiriza nnyo anti abamenyi b'amateeka abasinga bavubuka." }, { "english": "Thieves have different instruments to break into people's houses.", "luganda": "Ababbi bakozesa ebintu eby'enjawulo okusobola okuyingira mu mayumba g'abantu." }, { "english": "Some people employ private security guards to watch over their homes.", "luganda": "Abantu abamu bafuna abakuumi ab'obwannannyini okukuuma amaka gaabwe." }, { "english": "The government should put security lights on all roads to reduce crime.", "luganda": "Gavumenti erina okuteeka ebitaala ku nguudo zonna okusobola okukendeeza ku buzzi bw'emisango." }, { "english": "Local leaders work jointly with police in fighting crimes in communities.", "luganda": "Abakulembeze b'ebitundu bakolera wamu ne poliisi okulwanyisa obuzzi bw'emisango mu bitundu." }, { "english": "The army recovered many guns from local civilians in the Northern region.", "luganda": "Amagye gaazudde emundu eziwerako mu bantu ba bulijja okuva mu kitundu ky'obukiikaddyo." }, { "english": "Many people lose their lives because of armed robberies in the country.", "luganda": "Bangi bangi bafiirwa obulamu bwabwe olw'ababbi abakozesa emmundu mu ggwanga." }, { "english": "The government has done enough sensitization on sexually transmitted diseases.", "luganda": "Gavumenti ekoze okumanyisa okumala ku ndwadde z'obukaba." }, { "english": "The government allocates enough funds for health services every year.", "luganda": "Gavumenti eteeka ssente ezimala mu byobulamu buli mwaka." }, { "english": "Some patients don't complete their treatment doses.", "luganda": "Abalwadde abamu tebamalaayo ddoozi zaabwe." }, { "english": "Most people go to medical centres when their sickness is serious.", "luganda": "Abantu abasinga bagenda mu malwaliro ng'obulwadde bunyiinyiitidde." }, { "english": "Organizations work closely with the health ministry in controlling the spread of diseases.", "luganda": "Ebitongole bikolera wamu n'ekitongole ky'ebyobulamu mu kutangira ensaasaana y'endwadde." }, { "english": "The pandemic has made it difficult for some patients to pick treatment.", "luganda": "Ekirwadde bbunansi kikifudde kizibu eri abalwadde abamu okufuna eddagala." }, { "english": "Many people fear to do tests for some killer diseases.", "luganda": "Abantu abasinga batya okwekebeza ezimu ku ndwadde zi nnamutta." }, { "english": "On following the doctor's advice he has lived longer with the diseases.", "luganda": "Mu kugoberera ebiragiro by'omusawo awangadde n'obulwadde." }, { "english": "Many children in the country are orphans because of this disease.", "luganda": "Abaana bangi mu ggwanga bamulekwa olw'ekirwadde kino." }, { "english": "The number of people living with the virus increases annually.", "luganda": "Ennamba y'abantu abawangaala n'akawuka yeeyongera buli mwaka." }, { "english": "Patients in rural areas find it hard to get drugs.", "luganda": "Abalwadde mu byalo bakaluubirizibwa okufuna eddagala." }, { "english": "Female youths are at a high risk of getting the virus.", "luganda": "Abavuvuka abawala bali mu katyabaga kanene okufuna akawuka." }, { "english": "Some health centres lack enough testing items for the virus.", "luganda": "Ebifo ebijjanjabirwamu ebimu tebirina bintu bimala ebikebera kawuka." }, { "english": "Once you start taking these drugs you do it throughout your life.", "luganda": "Bw'otandika okumira eddagala lino okikola obulamu bwo bwonna." }, { "english": "The national medical store has few branches in the country.", "luganda": "Etterekero ly'eddagala ery'eggwanga lirina amatabi amatono mu ggwanga." }, { "english": "Many people have ignored the control measures of sexually transmitted diseases.", "luganda": "Abantu bangi tebafaayo ku ngeri z'okwetangira endwadde z'obukaba." }, { "english": "Local leaders have organised many seminars for the youth about the virus.", "luganda": "Abakulembeze b'ebyalo bategese emisomo gy'abavubuka egikwata ku kawuka." }, { "english": "Journalists were given skills on how to capture news during political rallies.", "luganda": "Bannamawulire baaweebwa obukodyo ku ngeri y'okusaka amawulire mu nkungaana z'ebyobufuzi." }, { "english": "Many journalists encounter challenges while covering the news.", "luganda": "Bannamawulire bangi basanga okusoomoozebwa nga basaka amawulire." }, { "english": "This is the third time he`s being arrested for car theft.", "luganda": "Guno mulundi gwa kusatu ng'akwatibwa olw'okubba emmotoka." }, { "english": "Car theft is very rampant in the country these days.", "luganda": "Obubbi bw'emmottoka bweyongedde mu ggwanaga ennaku zino." }, { "english": "Many stolen cars were rescued by police last year.", "luganda": "Emmotoka nnyingi ezabbibwa zaazuulibwa poliisi omwaka oguwedde." }, { "english": "He gave police a full list of his partners in crime.", "luganda": "Yawa poliisi olukalala lw'abo b'abba nabo." }, { "english": "Uganda revenue authority keeps a record of all vehicles in the country.", "luganda": "Ekitongole ekiwooza ky'omusolo kikuuma ebikwata ku mmotoka zonna mu ggwanga." }, { "english": "Owners of the recovered vehicles are pleased with police efforts.", "luganda": "Bannannyini mmotoka ezaazuuliddwa basanyufu olw'okufaayo kwa poliisi." }, { "english": "Some stolen cars are broken down and sold as spare parts.", "luganda": "Emmotoka ezimu ezibbwa zitemebwa ebyuma ne bitundibwa." }, { "english": "These thieves apply many tricks in stealing people's cars.", "luganda": "Ababbi bano bakozesa obukodyo mu kubba emmotoka." }, { "english": "Some cars are stolen in public places like bars as owners are drinking.", "luganda": "Emmotoka ezimu zibbibwa mu bifo by'olukale nga amabaala nga bannyinizo banywa." }, { "english": "A certain vehicle stolen in Uganda was found in the neighbouring country.", "luganda": "Emmotoka emu yabbibwa e Uganda yasangiddwa mu nsi ey'okumuliraano." }, { "english": "He was one of the best musicians in Northern Uganda.", "luganda": "Y'omu ku bayimbi abaali basinga mu bukiikaddyo bwa Uganda." }, { "english": "Indeed he was a man of people and a good person.", "luganda": "Mu butuufu yali muntu wa bantu era omuntu omulungi." }, { "english": "His fans will always remember him.", "luganda": "Abawagizi be baakumujjukiranga." }, { "english": "He was thirty-one years old when he died.", "luganda": "Yafiira ku myaka asatu mu gumu." }, { "english": "Before his death he sang many songs in his language.", "luganda": "Nga tannafa yayimba ennyimba nnyingi mu lulimi lwe." }, { "english": "Most of his songs had educational messages.", "luganda": "Ennyimba ze ezisinga zaalimu obubaka obuyigiriza." }, { "english": "Some musicians sing songs that provoke others to quarrel with them.", "luganda": "Abayimbi abamu bayimba ennyimba ezisoomooza abalala okuyombagana nabo." }, { "english": "The minister called upon musicians to always live an exemplary life.", "luganda": "Minisita yasaba abayimbi okubeera ekyokulabirako mu bulamu." }, { "english": "He loved and respected other artists in all ways.", "luganda": "Yayagala era ng'assa ekitiibwa mu bannabitone abalala mu ngeri zonna." }, { "english": "His music promoted peace and love among people in the region.", "luganda": "Ennyimba ze zaaleeta emirembe n'okwagala mu bantu b'ekitundu." }, { "english": "He has left a legacy for the people of Uganda especially in the north.", "luganda": "Alese omukululo mu bannanyuganda okusingira ddala mu bukiikaddyo." }, { "english": "There are few gospel artists in the district.", "luganda": "Abayimbi b'ennyimba z'eddiini batono mu disitulikiti." }, { "english": "It is on special occasions that most artists go for church services.", "luganda": "Tekitera kubaawo abayimbi abasinga okugenda mu masinzizo." }, { "english": "Many secular musicians claim to be Christians.", "luganda": "Abayimbi b'ennyimba z'ensi bangi beefula okuba abakurisito." }, { "english": "Many people copy the behaviours of musicians.", "luganda": "Abantu bangi bakoppa enneeyisa y'abayimbi." }, { "english": "The concert has attracted many international artists.", "luganda": "Ekivvulu kyetabiddwamu abayimbi abali ku ddaala ly'ensi yonna bangi." }, { "english": "Residents are eager to see whites entertaining them.", "luganda": "Abatuuze bali bulindaala okulaba nga basanyusibwa ba kyeruppe." }, { "english": "The cultural minister is ready to support the visitors throughout their music tower.", "luganda": "Minisita w'obuwangwa mweteefuteefu okuyambako abagenyi mu lugendo lwabwe olw'okuyimba." }, { "english": "A troupe of Ugandan cultural dances performed in America last year.", "luganda": "Ekibinja kya bannayuganda abazinyi kyayolesa mu America omwaka oguwedde." }, { "english": "Afrigo band is the most experienced instrumentalists in Uganda.", "luganda": "Afrigo band y'esinga abakubi b'ebivuga abamanyirivu mu Uganda." }, { "english": "This year many music shows have been cancelled due to the pandemic.", "luganda": "Omwaka guno ebivvulu by'ennyimba bisaziddwamu olw'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "Artists make a lot of money from international tours.", "luganda": "Bannabitone bakola ssente nnyingi okuva mu kutalaaga ensi." }, { "english": "There are many music students in higher institutions of higher learning.", "luganda": "Waliwo abayizi bangi abasoma okuyimba mu matendekero ga waggulu." }, { "english": "The government organises national music competitions for schools annually.", "luganda": "Gavumenti etegeka empaka z'okuyimba ez'amasomero okwetooloola eggwanga buli mwaka." }, { "english": "Several international artists have performed in Uganda.", "luganda": "Bannabitone bangi abali ku ddaala 'y'ensi yonna boolesezzaako mu Uganda." }, { "english": "Ugandans are so welcoming and take good care of visitors.", "luganda": "Bannayuganda baaniriza bulungi era bafa ku bagenyi." }, { "english": "Music can unite people of different cultures across the world.", "luganda": "Ennyimba zisobola okugatta abantu ab'obuwangwa obw'enjawulo okwetooloola ensi yonna." }, { "english": "The leader was so pleased with hosting Americans in his area.", "luganda": "Omukulembeze yali musanyufu okukyaza Abamerica mu kitundu kye." }, { "english": "Currently there are many music schools in Uganda compared to previous years.", "luganda": "Wetwogerera amasomero g'eby'okuyimba mangi mu Uganda okusinga emyaka egiyise." }, { "english": "Most solar systems are no longer functional.", "luganda": "Amasannyalaze g'amaanyi g'enjuba agasinga tegakyakola." }, { "english": "She is eight months pregnant.", "luganda": "Ali lubuto lwa myezi munaana." }, { "english": "She has not yet given birth.", "luganda": "Tannazaala." }, { "english": "I experienced severe labour pain.", "luganda": "Nnalumwa nnyo ebisa by'okuzaala." }, { "english": "There is a high mortality rate.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu abafa guli waggulu." }, { "english": "She did not make any antenatal visits.", "luganda": "Teyagendako mu kifo ab'embuto gye banywera eddagala." }, { "english": "Many expectant mothers died yesterday.", "luganda": "Bamaama abasulirira bangi baafudde eggulo." }, { "english": "Parents should always give their children career guidance.", "luganda": "Abazadde balina okulambika abaana baabwe ki mirimu gye banaakola mu biseera by'omu maaso." }, { "english": "All mothers gathered at the parish.", "luganda": "Bamaama bonna baakungaanidde ku ssaza." }, { "english": "Every family member should play their role.", "luganda": "Buli muntu mu maka alina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe." }, { "english": "My father will return home next year.", "luganda": "Taata wange ajja kukomawo ewaka omwaka ogujja." }, { "english": "Many men disrespect their wives.", "luganda": "Abasajja bangi tebawa bakyala baabwe kitiibwa." }, { "english": "Men were called upon to support their wives.", "luganda": "Abaami baasabiddwa okuyamba bakyala baabwe." }, { "english": "Family members should work together to promote peace and harmony.", "luganda": "Abooluganda balina okukolera awamu okuleetawo emirembe n'obumu." }, { "english": "A new men's association has been formed.", "luganda": "Ekibiina ky'abaami ekiggya kitondeddwawo." }, { "english": "I have been praying from the same church since childhood.", "luganda": "Nzize nsabira mu kkanisa y'emu okuva mu buto." }, { "english": "The organization comprises both men and women.", "luganda": "Ekitongole kirimu abaami n'abakyala." }, { "english": "The road will be tarmacked next month.", "luganda": "Oluguudo lujja kuyiibwa kkoolansi omwezi ogujja." }, { "english": "We enjoyed the entire journey.", "luganda": "Twanyumiddwa olugendo lwonna." }, { "english": "The government has allocated funds for road construction in our region.", "luganda": "Gavumenti etaddewo ensimbi ez'okukola oluguudo mu kitundu kyaffe." }, { "english": "New road signs have been put along Masaka road.", "luganda": "Obupande bw'oku nguudo obupya buteereddwa ku luguudo lw'e Masaka." }, { "english": "There are very many heavy tracks on the road.", "luganda": "Loore nnyingi ku luguudo." }, { "english": "The church is very far away.", "luganda": "Ekkanisa eri wala nnyo." }, { "english": "Many people were killed during the riots.", "luganda": "Abantu bangi battibwa wakati mu bwegugungo." }, { "english": "We have been complaining about the potholes since last year.", "luganda": "Tubaddenga twemulugunya ku binnya ebiri mu nguudo okuva omwaka oguwedde." }, { "english": "She was knocked down by a motorcycle.", "luganda": "Yatomeddwa pikipiki." }, { "english": "People are being tested for malaria.", "luganda": "Abantu bakeberebwa musujja gwa nsiri." }, { "english": "The health centre is open every day.", "luganda": "Eddwaliro libeera liggule buli lunaku." }, { "english": "The doctors work every day.", "luganda": "Abasawo bakola buli lunaku." }, { "english": "Many patients were admitted last week.", "luganda": "Abalwadde bangi baaweebwa ebitanda wiiki ewedde." }, { "english": "The health centre is being renovated.", "luganda": "Eddwaliro liri mu kuddaabirizibwa." }, { "english": "More money was donated to renovate the hospital.", "luganda": "Ssente endala zaaweereddwayo okuddaabiriza eddwaliro." }, { "english": "There isn't enough medicine in the pharmacy.", "luganda": "Mu ttundiro ly'eddagala temuli ddagala limala." }, { "english": "Children were taken for immunization.", "luganda": "Abaana baatwaliddwa okugemebwa." }, { "english": "The laboratory lacks testing equipment.", "luganda": "Ekkeberero teririna bikebera." }, { "english": "The hospital hired more nurses.", "luganda": "Eddwaliro lyaleeta abasawo abalala." }, { "english": "More doctors are needed in our region.", "luganda": "Abasawo abalala beetaagibwa mu kitundu." }, { "english": "We were advised to go for regular health check-ups.", "luganda": "Twaweebwa amagezi okugendanga okwekebeza buli kadde." }, { "english": "We were advised to obey the law at all times.", "luganda": "Twaweebwa amagezi okugondera amateeka obudde bwonna." }, { "english": "The constitution has been revised.", "luganda": "Ssemateeka akoleddwamu ennongoosereza." }, { "english": "The chairman called for a community meeting.", "luganda": "Ssentebe yayita olukiiko lw'ekyalo." }, { "english": "He told us to work towards eliminating poverty.", "luganda": "Yatugamba tukole okwegobako obwavu." }, { "english": "The chairman asked us for our challenges.", "luganda": "Ssentebe yatubuuza ebitusoomooza." }, { "english": "We were advised to boil water before drinking it.", "luganda": "Twaweebwa amagezi okufumba amazzi nga tetunnaganywa." }, { "english": "Many youths are venturing into agriculture.", "luganda": "Bangi beenyigidde mu bulimi n'obulunzi" }, { "english": "The youth wrote a letter addressing their challenges.", "luganda": "Abavubuka baawandiika ebbaluwa bannyonnyola ebibasomooza." }, { "english": "All candidates were urged to conduct non-chaotic campaigns.", "luganda": "Abeesimbyewo bonna baakubirizibwa okukola kakuyege ataliimu kavuyo." }, { "english": "We should keep our homes clean.", "luganda": "Tulina okukuuma amaka gaffe nga mayonjo." }, { "english": "We failed to find clean water anywhere.", "luganda": "Twalemererwa okufuna amazzi amayonjo awantu wonna." }, { "english": "Students are advised to participate in sports activities.", "luganda": "Abayizi baweebwa amagezi okwenyigira mu byemizannyo." }, { "english": "He spends most of his time at school playing football.", "luganda": "Obudde bwe obusinga abumala ku ssomero ng'azannya mupiira." }, { "english": "The students are scared of examinations.", "luganda": "Abayizi batidde ebigezo." }, { "english": "Many children have access to free education.", "luganda": "Abaana abasinga basomera bwereere." }, { "english": "The school budget has not been shared.", "luganda": "Embalirira y'essomero teyanjuddwa." }, { "english": "The headteacher gave the opening remarks.", "luganda": "Omukulu w'essomero yayogera ebigambo ebyaggulawo." }, { "english": "More money has been invested in sports activities.", "luganda": "Ssente endala ziteekeddwa mu byemizannyo." }, { "english": "Most schools are overpopulated.", "luganda": "Amasomero agasinga galimu omujjuzo." }, { "english": "The school needs more funds to sustain the students.", "luganda": "Essomero lyetaaga obuyambi obulala okubeezaawo abayizi." }, { "english": "The headteacher banned sports activities.", "luganda": "Omukulu w'essomero yaweze ebyemizannyo." }, { "english": "It is very costly to conduct a sports gala.", "luganda": "Kya buseere nnyo okutegeka empaka z'emizannyo egy'omwetooloolo." }, { "english": "Our school won the football tournament.", "luganda": "Essomero lyaffe lyawangudde empaka z'omupiira gw'ebigere." }, { "english": "She was sentenced to death.", "luganda": "Yasibiddwa mayisa." }, { "english": "He bribes the magistrate.", "luganda": "Agulirira omulamuzi." }, { "english": "The suspect of the theft was arrested.", "luganda": "Ateeberezebwa okuba omubbi yakwatiddwa." }, { "english": "He was then taken to court for a hearing.", "luganda": "Yatwaliddwa mu kkooti okuwulira omusango." }, { "english": "He pleaded innocent but was imprisoned.", "luganda": "Yeegaana omusango naye yasibibwa." }, { "english": "His father was murdered last week.", "luganda": "Taata we yatemulwa wiiki ewedde." }, { "english": "Mob justice is highly punishable.", "luganda": "Okutwalira amateeka mu ngalo kibonerezebwa nnyo." }, { "english": "She is very sober.", "luganda": "Ategeera bulungi nnyo." }, { "english": "Her mother watched her die.", "luganda": "Maama we yamulaba nga afa." }, { "english": "She was knocked down by a car.", "luganda": "Yatomerwa emmotoka." }, { "english": "Her laptop was stolen on her way to school.", "luganda": "Kompyuta ye ey'omu ngalo yabbibwa ng'agenda ku ssomero." }, { "english": "She tried to chase the thief but all in vain.", "luganda": "Yagezaako okugoba omubbi naye tekyasoboka." }, { "english": "They announced his death on every radio station in Uganda.", "luganda": "Baamubise ku mikutu gya laadiyo gyonna mu Uganda." }, { "english": "The construction works have begun.", "luganda": "Emirimu gy'okuzimba gitandise." }, { "english": "The road construction has not yet started.", "luganda": "Okuzimba oluguudo tekunnatandika." }, { "english": "I am very good at swimming.", "luganda": "Ndi mulungi nnyo mu kuwuga." }, { "english": "She drowned in the pool.", "luganda": "Yabbira mu kidiba ekiwugirwamu." }, { "english": "The swimming pool area is very unsafe.", "luganda": "Ekidiba ekiwugirwamu kya bulabe nnyo." }, { "english": "She visited her auntie yesterday.", "luganda": "Yakyaliddeko ssengaawe eggulo." }, { "english": "They are planning to construct a bridge.", "luganda": "Bateekateeka kuzimba lutindo." }, { "english": "Some people lost their lives in the building that collapsed.", "luganda": "Abantu abamu baafiirwa obulamu bwabwe mu kizimbe ekyagwa." }, { "english": "The construction of the school has taken so long to be accomplished.", "luganda": "Okuzimba essomero kututte ebbanga ddene okumalirizibwa." }, { "english": "Most patients have been discharged.", "luganda": "Abalwadde abasinga basiibuddwa." }, { "english": "Most hospitals are dilapidated.", "luganda": "Amalwaliro agasinga gali mu mbeera mbi." }, { "english": "He was requested to pay for the medicine.", "luganda": "Yasabibwa okusasulira eddagala." }, { "english": "She can not afford to pay for antenatal services.", "luganda": "Tasobola kusasulira kulabirira lubuto." }, { "english": "Her brother purchased some medicine for her.", "luganda": "Muganda we omulenzi yamugulira edagala erimu." }, { "english": "The hospital is indebted.", "luganda": "Eddwaliro libanjibwa." }, { "english": "We should help the needy.", "luganda": "Tulina okuyamba abali mu bwetaavu." }, { "english": "The project plan was shared with me.", "luganda": "Naweereddwako ku nteekateeka ya pulojekiti." }, { "english": "The chairman advised us to apply for loans.", "luganda": "Ssentebe yatuwadde amagezi okusaba okwewola." }, { "english": "We are fundraising to build a school.", "luganda": "Tusonda nsimbi za kuzimba ssomero." }, { "english": "There are very few schools in my home village.", "luganda": "Amasomero matono nnyo ku kyalo kyange." }, { "english": "The government sponsors some students.", "luganda": "Gavumenti eweerera abayizi abamu." }, { "english": "The headteacher called for a staff meeting.", "luganda": "Omukulu w'essomero yayita olukiiko lw'abasomesa." }, { "english": "The school budget was discussed.", "luganda": "Embalirira y'essomero yakubaganyiziddwako ebirowoozo." }, { "english": "All schools said that they needed more funding to feed the students.", "luganda": "Amasomero gonna gaategeeza nti geetaaga obuyambi obulala okuliisa abayizi." }, { "english": "Some money was granted to us.", "luganda": "Ensimbi ezimu zaatuweebwa." }, { "english": "There is no hospital in the whole district.", "luganda": "Mu disitulikiti yonna temuli ddwaliro." }, { "english": "People love access to free resources.", "luganda": "Abantu baagala okufuna ebintu by'obwereere." }, { "english": "Sometimes things do not turn out as we expect.", "luganda": "Ebiseera ebimu ebintu tebijja nga bwe tubisuubira." }, { "english": "He made a very fair and just decision.", "luganda": "Yakola okusalawo okw'amazima n'obwenkanya." }, { "english": "It is the responsibility of parents to take care of the needs of their children.", "luganda": "Buvunaanyizibwa bw'abazadde okulabirira abaana baabwe." }, { "english": "Your money is safer if kept on the bank account.", "luganda": "Ssente zo ziba n'obukuumi singa ozitereka mu banka." }, { "english": "What is your occupation?", "luganda": "Okola mulimu ki?" }, { "english": "That piece of land is privately owned.", "luganda": "Ettaka eryo lya bwannannyini." }, { "english": "The fence around our home helped reduce the number of intruders.", "luganda": "Ekikomera ku maka gaffe kyatuyamba okukendeeza ku bantu bajja nga tebalina lukusa." }, { "english": "Investments help us generate revenue.", "luganda": "Okusiga ssente kituyamba okufuna omusolo." }, { "english": "Members of parliament represent different regions of the country.", "luganda": "Abakiise ba paalamenti bakiikirira ebitundu by'eggwanga eby'enjawulo." }, { "english": "Money is necessary for development.", "luganda": "Ensimbi zeetaagibwa mu nkulaakulana." }, { "english": "The old buildings in our school were demolished.", "luganda": "Ebizimbe ebikadde mu ssomero lyaffe byaggyiddwawo." }, { "english": "Waterfalls attract tourists.", "luganda": "Ebiyiriro bisikiriza abalambuzi." }, { "english": "I want to tour the northern region of Uganda.", "luganda": "Njagala okulambuula ekitundu kya Uganda eky'obukiikakkono." }, { "english": "We visited historic sites at the Uganda museum during the school tour.", "luganda": "Twakyalira ebifo by'ebyafaayo mu kkaddiyizo lya Uganda mu kulambula kw'essomero." }, { "english": "People move long distances to see interesting things.", "luganda": "Abantu batambula engendo mpanvu okulaba ebintu ebinyuma." }, { "english": "Some historic sites have existed for thousands of years.", "luganda": "Ebifo by'ebyafaayo ebimu bibaddewo okumala enkumi n'enkumi z'emyaka." }, { "english": "If you believe in yourself you shall achieve big.", "luganda": "Bw'oba wekkiririzaamu ojja kuwangula bingi." }, { "english": "Be aware of the environment around you.", "luganda": "Beera mwerinde ku byonna ebikwetoolodde." }, { "english": "Long ago foreigners created colonies in Africa.", "luganda": "Edda ennyo abafuzi b'amatwale baatondawo amawanga mu Afirika." }, { "english": "What are some of the tour sites in your area?", "luganda": "Bifo ki ebirimu eby'obulambuzi mu kitundu kyo?" }, { "english": "The doctor advised her to eat a balanced diet.", "luganda": "Omusawo yamuwa amagezi okulya emmere erimu ebirungo byonna." }, { "english": "Malnourished people are more prone to diseases.", "luganda": "Abantu abalya obubi baba nnyo mu katyabaga k'okukwatibwa endwadde." }, { "english": "Projects take a given period of time to be implemented.", "luganda": "Pulojekiti zitwala ebbanga eggere okuteekebwa mu nkola." }, { "english": "What causes some students to perform poorly in schools?", "luganda": "Kiki ekireetera abayizi abamu okusoma obubi mu amasomero?" }, { "english": "Farmers can grow crops and rear animals at the same time.", "luganda": "Abalimi basobola okulima ebimera n'okulunda ebisolo mu budde bwe bumu." }, { "english": "The new orange sweet potatoes are very delicious.", "luganda": "Lumonde owa kipaapaali omupya awooma nnyo." }, { "english": "How can parents improve their children's nutrition?", "luganda": "Abazadde bayinza batya okwongera ku ndya y'abaana baabwe?" }, { "english": "You should eat energy giving foods.", "luganda": "Mulina okulya emmere ezzaamu amaanyi." }, { "english": "What are the symptoms of malnourishment?", "luganda": "Bubonero ki obw'endya embi?" }, { "english": "I usually take deworming tablets every month.", "luganda": "Ntera okumira amakerenda g'ebuwuka buli mwezi." }, { "english": "Expectant mothers should be very mindful of their diet.", "luganda": "Bamaama abali embuto balina okufaayo ennyo ndya yaabwe." }, { "english": "My children shall have to attend the best schools in Uganda.", "luganda": "Abaana bange bajja kugenda ku masomero agasinga obulungi mu Uganda" }, { "english": "Foods rich in vitamins help improve our body immunity.", "luganda": "Emmere erimu ekiriisa kya vitamiini eyamba okwongera ku busobozi bw'emibiri gyaffe okulwanyisa endwadde." }, { "english": "Farmers sell their produce to the market.", "luganda": "Abalimi batunda ebirime byabwe mu katale." }, { "english": "Our headteacher shall address the school tomorrow.", "luganda": "Omukulu w'essomero lyaffe ajja okwogerako eri essomero enkya." }, { "english": "Small plots of land can be used for subsistence farming.", "luganda": "Poloti z'ettaka entono zisobola okukozesebwa okulimibwako emmere y'okulya ewaka." }, { "english": "Training equips us with more confidence.", "luganda": "Okutendekebwa kutuwa okwekkiririzaamu ennyo." }, { "english": "Energy-saving stoves are commonly used in schools of late.", "luganda": "Sitoovu ezikekkereza amasannyalaze zisinga kukozesebwa mu masomero ensangi zino." }, { "english": "Politicians are important people in society.", "luganda": "Bannabyabufuzi bantu ba mugaso mu kitundu." }, { "english": "Who is in charge of planning for the upcoming wedding?", "luganda": "Ani avunaanyizibwa ku kuteekateeka kw'embaga ejja?" }, { "english": "Our meeting shall be held next month.", "luganda": "Olukiiko lwaffe lwa kubaawo omwezi ogujja." }, { "english": "I think it is disrespectful to walk out on an ongoing meeting.", "luganda": "Ndowooza buba butawa bantu kitiibwa okufuluma ng'olukiiko lugenda mu maaso." }, { "english": "Meetings help us come up with necessary resolutions.", "luganda": "Enkiiko zituyamba okukola okusalawo okwetaagisa." }, { "english": "Employers like to hire competent workers.", "luganda": "Abakozesa baagala okukozesa abakozi abamanyi kye bakola." }, { "english": "Leaders are elected into office to serve the public.", "luganda": "Abakulembeze balondebwa mu woofiisi okuweereza bantu." }, { "english": "The decision made was to transfer our headteacher to another school.", "luganda": "Okusalawo okwakolebwa kwali kwa kukyusa mukulu w'essomero lyaffe okumutwala mu ssomero ddala." }, { "english": "I have a right to support what I feel I want.", "luganda": "Nina eddembe okuwagira kye mpulira nga kye njagala." }, { "english": "Let us avoid illegal ways of doing things.", "luganda": "Twewale okukola ebintu mu ngeri etali mu mateeka." }, { "english": "All the participants rightly followed procedures in the contest.", "luganda": "Abeetabi bonna baagoberedde emitendera gy'empaka mu butuufu." }, { "english": "Moody people are easy to deal with.", "luganda": "Abantu abava mu mbeera bangu ba kukolagana nabo." }, { "english": "People are fond of betraying others.", "luganda": "Abantu batera okulyamu abalala enkwe." }, { "english": "How can we enforce justice?", "luganda": "Tuyinza tutya okuleetawo obwenkanya?" }, { "english": "We were given two weeks to appear before the court.", "luganda": "Twaweebwa wiiki bbiri okulabikako mu kkooti." }, { "english": "We need committed teachers to teach candidate classes.", "luganda": "Twetaaga abasomesa abamalirivu okusomesa mu bibiina eby'akamalirizo." }, { "english": "Teachers play a vital role in our society.", "luganda": "Abasomesa bakola omulimu gwa ttendo mu bitundu byaffe." }, { "english": "The history teacher rarely turns up for our classroom lessons.", "luganda": "Omusomesa w'ebyafaayo tatera kujja kutusomesa." }, { "english": "I want to learn to read and write in my local language.", "luganda": "Njagala kuyiga kusoma n'okuwandiika mu lulimi lwange." }, { "english": "Teachers use lesson plans during the teaching process.", "luganda": "Abasomesa bakozesa enteekateeka y'essomo nga basomesa." }, { "english": "Teachers that teach in government schools are on the government payroll.", "luganda": "Abasomesa abasomesa mu masomero ga gavumenti basasulwa gavumenti." }, { "english": "Children are taken to school to learn how to read and write.", "luganda": "Abayizi batwalibwa ku ssomero kuyiga kusoma n'okuwandiika." }, { "english": "Training programs have been set for all teachers to attend.", "luganda": "Enteekateeka y'okutendeka etegekeddwa abasomesa bonna okwetabamu." }, { "english": "After the performance evaluation some workers were fired.", "luganda": "Oluvannyuma lw'okwekenneenya enkola yaabwe abakozi abamu baagobwa." }, { "english": "Good performers should be awarded as a way of motivating them.", "luganda": "Abakola obulungi balina okusiimibwa ng'engeri y'okubazzaamu amaanyi." }, { "english": "Training helps to shape our skills.", "luganda": "Okutendekebwa kuyamba okwogiwaza obukugu." }, { "english": "Nursery children are taught how to read and identify letters of the alphabet.", "luganda": "Abaana ba nnassale basomesebwa engeri y'okusoma n'okumanya ennyukuta walifu." }, { "english": "Happiness is a choice.", "luganda": "Essanyu lya kyeyagalire." }, { "english": "Pupils write their notes in exercise books.", "luganda": "Abayizi bawandiika bye basomye mu bitabo." }, { "english": "How can one create a successful business?", "luganda": "Omuntu ayinza atya okutondawo bizinensi efuna?" }, { "english": "Citizens of every country have an obligation to pay taxes.", "luganda": "Abantu ba buli ggwanga kibakakatako okusasula omusolo." }, { "english": "Transport costs have hiked so much during this season.", "luganda": "Ebisale by'entambula biwanikiddwa nnyo mu sizoni eno." }, { "english": "Higher transport costs could lead to increased costs of production.", "luganda": "Ebisale by'entambula ebiri waggulu byandireetera okulinnya kw'ebintu ebikozesebwa mu kufulumya." }, { "english": "It is not that easy to cross a river.", "luganda": "Si kyangu okusomoka omugga." }, { "english": "God answers our prayers.", "luganda": "Katonda addamu essaala zaffe." }, { "english": "The bridge helps us cross the river easily.", "luganda": "Olutindo lutuyamba okusomoka amangu omugga." }, { "english": "Some decisions are made on behalf of others.", "luganda": "Okusalawo okumu kukolebwa ku lw'abalala." }, { "english": "How long does it take to construct a bridge?", "luganda": "Kitwala bbanga ki okuzimba olutindo?" }, { "english": "The manager declined the engineer's contract because his work was unimpressive.", "luganda": "Omukulu yasazaamu endagaano ya yinginiya kubanga omulimu gwe gwali tegusikiriza." }, { "english": "Report theft cases to the authorities.", "luganda": "Loopa emisango gy'obubbi eri ab'obuyinza." }, { "english": "Business people import products from other countries and sell them to locals.", "luganda": "Abasuubuzi baleeta ebintu okuva mu mawanga g'ebweru ne babiguza abantu b'omu nsi zaabwe." }, { "english": "You shall find most of the shops in the trading centre.", "luganda": "Ojja kusanga amaduuka agasinga mu kabuga." }, { "english": "Traders are free to import or export their products.", "luganda": "Abasuubuzi ba ddembe okuyingiza oba okufulumya ebintu byabwe eggwanga." }, { "english": "How can we promote international trade?", "luganda": "Tuyinza tutya okutumbula okusuubulagana kw'ensi yonna." }, { "english": "Goods entering into Uganda are first checked at the border points.", "luganda": "Ebyamaguzi ebiyingira mu Uganda bisooka kukeberebwa ku nsalo." }, { "english": "Everyone should care and love foreigners.", "luganda": "Buli omu alina okufaayo n'okwagala abagwira." }, { "english": "Businesses successfully grow in a secure environment.", "luganda": "Bizinensi zikula bulungi mu kitundu ekirimu obukuumi." }, { "english": "Why would people mistreat others?", "luganda": "Lwaki abantu banditulugunyizza bannaabwe?" }, { "english": "Rice grains are eaten as food.", "luganda": "Empeke z'omuceere ziriibwa ng'emmere." }, { "english": "Uganda has several neighbouring countries.", "luganda": "Uganda erina amawanga ag'enjawulo agagiriraanye." }, { "english": "Business people enjoy the profits from their businesses.", "luganda": "Abasuubuzi bafuna amagoba agava mu bizinensi zaabwe." }, { "english": "Middlemen in business usually sell at a higher cost compared to the original.", "luganda": "Ba bulooka mu bizinesi bulijjo batundira ku muwendo gwa waggulu okusinga omutuufu." }, { "english": "I go to the market on Saturday to buy foodstuffs.", "luganda": "Ngenda mu katale ku lwomukaaga okugula ebyokulya." }, { "english": "I negotiate with the shop attendants to save money on shopping.", "luganda": "Nteeseganya n'atunda mu dduuka okusobola okufissaawo ku ssente ezigula ebintu." }, { "english": "We have many immigrants in Uganda nowadays.", "luganda": "Tulina abantu bangi abayingira eggwanga ennaku zino." }, { "english": "Traders with the same kind of products operate in the same market.", "luganda": "Abasuubuzi abalina ebintu ebifaanagana bakolera mu katale ke kamu." }, { "english": "Idle resources should actively be put to use.", "luganda": "Ebintu ebitakozesebwa birina okukozesebwa." }, { "english": "Income-generating projects are beneficial to society.", "luganda": "Pulojekiti ezivaamu ensimbi za muganyulo eri ekitundu." }, { "english": "Some resources never serve the intended purpose.", "luganda": "Ebintu ebimu tebikozesebwa mulimu gwe bigendereddwa." }, { "english": "What is the value of computer training to youths?", "luganda": "Okutendeka abavubuka okuyiga kompyuta kya muganyulo ki?" }, { "english": "Some machines are too complex to be understood by the users.", "luganda": "Ebyuma ebimu buzibu bya kutegeera eri abo ababikozesa." }, { "english": "There is flooding in Moyo district.", "luganda": "Mu disitulikiti y'e Moyo waliyo amataba." }, { "english": "People have been left homeless.", "luganda": "Abantu basigadde tebalina we babeera." }, { "english": "People do not have food to eat.", "luganda": "Abantu tebalina mmere ya kulya." }, { "english": "The leaders should provide humanitarian aid to the people.", "luganda": "Abakulembeze balina okuwa abantu obuyambi." }, { "english": "The government should construct a dam to control the high levels of water.", "luganda": "Gavumenti erina okuzimba ebbibiro okukendeeza ku bungi bw'amazzi." }, { "english": "The floods have destroyed people's property.", "luganda": "Amataba goonoonye ebintu by'abantu." }, { "english": "People are at risk of disease outbreaks like malaria.", "luganda": "Abantu bali mu katyabaga k'okubalukawo kw'obulwadde nga omusujja gw'ensiri." }, { "english": "People have no clothing to put on.", "luganda": "Abantu tebalina ngoye za kwambala." }, { "english": "The government will register the affected people and furnish them with aid.", "luganda": "Gavumenti ejja kuwandiika abantu abakoseddwa era baweebwe obuyambi." }, { "english": "The high levels of water in the Nile brought about the flooding.", "luganda": "Obungi bw'amazzi mu Nile bwaleeseewo amataba." }, { "english": "People refused to vacate the areas near the river bank.", "luganda": "Abantu baagaana okuva mu bifo ebiri okumpi n'embalama z'ennyanja." }, { "english": "Some people vacated after being affected by heavy rains.", "luganda": "Abantu abamu baavaawo oluvannyuma lw'okukosebwa enkuba ennyingi." }, { "english": "There is a poor transport network in the districts.", "luganda": "Disitulikiti zirimu enguudo embi." }, { "english": "The district lacks finances to enhance service provision.", "luganda": "Disitulikiti terina nsimbi okwongeza ku mpeereza." }, { "english": "The district needs to carry out road reconstruction.", "luganda": "Disitulikiti yeetaaga okuddamu okuzimba enguudo." }, { "english": "The district leaders are looking out for solutions to improve the transport network.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti banoonya mpenda za kutumbula ebyantambula." }, { "english": "Uganda national roads authority is effective at road construction.", "luganda": "Ekitongole ky'ebyenguudo mu Uganda kikola bulungi enguudo." }, { "english": "The government should increase the income allocated towards road construction.", "luganda": "Gavumenti erina okwongera ku nsimbi eziteekebwa mu kukola enguudo." }, { "english": "The district lacks finances to carry out road reparation.", "luganda": "Disitulikiti terina ssente za kuddaabiriza enguudo." }, { "english": "The government should increase the funds allocated to local governments.", "luganda": "Gavumenti erina okwongera ku ssente eziweebwa gavumenti ez'ebitundu." }, { "english": "The district lacks funds to maintain road equipment.", "luganda": "Disitulikiti terina ssente za kukuuma ebyo ebikozesebwa mu kukola nguudo." }, { "english": "Uganda national roads authority will take over road construction at the district.", "luganda": "Ekitongole ky'enguudo kijja kwezza omulimu gw'okukola enguudo ku disitulikiti." }, { "english": "District leaders brought the ministry of transport on board to improve road transport.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti baatudde ne minisitule y'ebyentambula ku nsonga y'okutumbula entambula y'oku nguudo." }, { "english": "An army officer defiled a fourteen-year-old girl.", "luganda": "Omuserikale w'amagye yayagala akawala akatanneetuuka ow'emyaka kkumi n'ena." }, { "english": "The soldier impregnated the girl.", "luganda": "Omusirikale yafunisa omuwala olubuto." }, { "english": "The police are investigating the case.", "luganda": "Poliisi enoonyereza ku musango." }, { "english": "The family of the girl wants justice to prevail.", "luganda": "Abooluganda lw'omuwala baagala bwenkanya buveeyo." }, { "english": "The army officer has portrayed a bad image of the army.", "luganda": "Ow'amagye alaze ekifaananyi ky'amagye ekibi." }, { "english": "The soldier will be charged in the court-martial.", "luganda": "Omusirikale waakuvunaanibwa mu kkooti y'amagye." }, { "english": "There are more cases of defilement in the area.", "luganda": "Emisango gy'okwagala abaana abatanneetuuka mingi mu kitundu." }, { "english": "Security officials manipulated the case involving the army officer.", "luganda": "Omusango ogwalimu ofiisa ow'amagye ab'ebyokwerinda baagukwata kisajja kikulu." }, { "english": "The defiled girl disappeared from the area.", "luganda": "Omuwala eyasobezebwako yabula ku kitundu." }, { "english": "The soldier was deployed in another district.", "luganda": "Omuserikale yateekeddwa mu disitulikiti endala." }, { "english": "The police submitted the report to the inspector general of police.", "luganda": "Poliisi yawaddeyo alipoota eri ssaabapoliisi." }, { "english": "The criminal should be arrested.", "luganda": "Omuzzi w'emisango alina okukwatibwa." }, { "english": "Parents reported the case to the offices of the Uganda people's defence forces.", "luganda": "Abazadde baawaaba omusango mu woofiisi y'amagye g'eggwanga." }, { "english": "The army will carry out investigations to complete the file.", "luganda": "Amagye gajja kukola okunoonyereza okusobola okumaliriza omusango." }, { "english": "The soldier will be brought before the unit disciplinary committee.", "luganda": "Omuserikale ajja kusimbibwa mu maaso g'akakiiko akakwasisa empisa." }, { "english": "The youths are the leaders of tomorrow.", "luganda": "Abavubuka be abakulembeze b'enkya." }, { "english": "The people of Moyo protested over bad roads.", "luganda": "Abantu mu b'e Moyo beekalakaasa olw'enguudo mbi." }, { "english": "The district has failed to improve the road networks in the area.", "luganda": "Disitulikiti eremereddwa okwongera ku mutindo gw'enguudo mu kitundu." }, { "english": "The district commissioned the construction of two main roads in Moyo district.", "luganda": "Disitulikiti yatongoza okuzimba kw'enguudo zi mwasanjala bbiri mu disitulikiti y'e Moyo." }, { "english": "The government allocated thirteen billion towards road construction in Moyo district.", "luganda": "Gavumenti yawa obuse kkumi na busatu okukola enguudo mu disitulikiti y'e Moyo." }, { "english": "People cannot access health and education services because of poor roads.", "luganda": "Abantu tebasobola kutuuka mu malwaliro na masomero lwa nguudo mbi." }, { "english": "Leaders should ensure transparency in the management of resources.", "luganda": "Abakulembeze balina okuba abeerufu mu nkwata y'ebintu." }, { "english": "People in the area will acquire employment opportunities.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu bajja kufuna emirimu." }, { "english": "The ministry of works carried out surveys before commencing road construction.", "luganda": "Minisitule y'enguudo ya kusooka kukola kunoonyereza ng'okukola oluguudo tekunnatandika." }, { "english": "Local governments should work together to improve service provision in their areas.", "luganda": "Gavumenti z'ebitundu zirina okukolera awamu okusobola okwengeza ku mpeereza mu bitundu." }, { "english": "The district leaders will monitor government projects.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti bajja kulondoola pulojekiti za gavumenti." }, { "english": "People should cooperate to enhance development in the district.", "luganda": "Abantu balina okukolera awamu okusobola okwongera ku nkulaakulana mu disitulikiti." }, { "english": "Leaders should work hard for the good of society.", "luganda": "Abakulembeze balina okukola ennyo ku lw'obulungi bw'ekitundu." }, { "english": "The construction companies will recruit people from Moyo and Obongi districts.", "luganda": "Kampuni enzimbi zijja kujja abakozi mu disitulikiti z'e Moyo ne Obongi." }, { "english": "The workforce should be effective and efficient.", "luganda": "Abakozi balina okukola obulungi era mu bwangu." }, { "english": "The government purchased an ambulance for Moyo district.", "luganda": "Gavumenti yagulira disitulikiti y'e Moyo emmotoka etwala abalwadde okujjanjabwa." }, { "english": "The ambulance was handed over to the hospital administration.", "luganda": "Emmotoka etambuza abalwadde yakwasiddwa abaddukanya eddwaliro." }, { "english": "The people of Moyo district were hospitable towards the refugees.", "luganda": "Abantu mu disitulikiti y'e Moyo baayaniriza abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "People treat each other like brothers and sisters.", "luganda": "Abantu beeyisa nga abooluganda." }, { "english": "The people of Moyo district provided land for the refugees.", "luganda": "Abantu ba disitulikiti y'e Moyo disitulikiti baawa abanoonyiboobubudamu ettaka." }, { "english": "The district health department should use the ambulance to enhance health services in the area.", "luganda": "Ab'ebyobulamu ku disitulikiti balina okukozesa emmotoka etambuza obulwadde okutumbula ebyobulamu mu kitundu." }, { "english": "The hospital has been equipped with health equipment.", "luganda": "Eddwaliro liteekeddwamu ebikozesebwa mu byobulamu." }, { "english": "This hospital provides health care to most of the people in the area.", "luganda": "Eddwaliro lino liwa abantu abasinga mu kitundu obuweereza mu byobulamu." }, { "english": "People no longer walk long distances to access medical services.", "luganda": "Abantu tebakyatambula ngendo mpanvu okufuna obujjanjabi." }, { "english": "People should not use the ambulance for personal interests.", "luganda": "Abantu tebalina kukozesa mmotoka ezitambuza abalwadde okukola ebyo ebibagasa bbo nga bbo." }, { "english": "The district leaders will be held accountable for the misuse of the ambulance.", "luganda": "Abakulembeze ku disitulikiti baakuvunaanyizibwa ku kukozesa obubi emmotoka etambuza balwadde." }, { "english": "People have strongly opposed scientific campaigns during the coronavirus pandemic.", "luganda": "Abantu bagaanidde ddala kakuyege ya ssaayansi mu biseera by'ekirwadde bbunansi eky'akawuka ka kolona." }, { "english": "The electoral commission directed the candidates to campaign using media and social media.", "luganda": "Akakiiko k'ebyokulonda kaalagidde abeesimbyewo okunoonyeza akalulu ku mikutu gy'amawulire n'emikutu emigattabantu.." }, { "english": "Opposition candidates do not have the finances to advertise on television stations.", "luganda": "Ab'oludda oluvuganya gavumenti tebalina nsimbi za kulangira ku mikutu gya ttivvi." }, { "english": "Politicians asserted that media campaigns deny people the right to access accurate information.", "luganda": "Ab'ebyobufuzi bakkaatiriza nti kakuyege w'emikutu gy'amawulire giremesa abantu okufuna obubaka obutuufu." }, { "english": "Opposition candidates have been denied access to media stations.", "luganda": "Ab'oludda oluvuganya niddwa okutuuka ku mikutu gy'amawulire." }, { "english": "Elections are not free and fair.", "luganda": "Okulonda si kwa mazima na bwenkanya." }, { "english": "The electoral commission did not consult stakeholders when portraying the election road map.", "luganda": "Akakiiko k'ebyokulonda tekeebuuza ku be kikwatako nga kafulumya ebinaagobereerwa mu kulonda." }, { "english": "The area is limited to only two radio stations.", "luganda": "Ekifo kirimu emikutu gya laadiyo ebiri gyokka." }, { "english": "Politicians claimed that media campaigns are not effective.", "luganda": "Bannabyafuzi baagambye nti emikutu gy'amawulire si tegikola kimala." }, { "english": "The system of media campaigns helps only the incumbents because they are popular.", "luganda": "Enkola y'okunoonyeza akalulu ku emikutu gy'amawulire eyamba bali mu buyinza bokka kubanga bamanyiddwa." }, { "english": "Politicians are discontented about the system of campaigning scientifically.", "luganda": "Bannabyabufuzi si bamativu n'enkola y'okunoonyeza akalulu mu nkola ya ssaayansi." }, { "english": "Politicians advocate for postponement of elections until the coronavirus pandemic is under control.", "luganda": "Bannabyabufuzi basaba okulonda kwongezebweyo okutuusa nga akawuka ka kolona akabunye ensi yonna kamaliddwawo." }, { "english": "The scientific system of campaigning prevents politicians from reaching the common people.", "luganda": "Enkola y'okunoonyeza akalulu eya saayansi etangira bannabyabufuzi okutuuka ku bantu ba wansi." }, { "english": "Some politicians have vowed not to follow the electoral commission guidelines.", "luganda": "Bannabyabufuzi abamu beeweze obutagoberera biragiro by'akakiiko k'ebyokulonda." }, { "english": "Parents have married off their daughters at a young age.", "luganda": "Abazadde bafumbizza abaana baabwe abawala ku myaka emito." }, { "english": "The district should organise conferences to inform the girl child about sex education.", "luganda": "Disitulikiti erina okutegeka enkungaana okutegeeza abaana abawala ku misomo gy'okwegatta." }, { "english": "More people got pregnant during the lockdown.", "luganda": "Abantu bangi baafuna embuto mu biseera by'omuggalo." }, { "english": "Parents should protect their children from bad peer groups.", "luganda": "Abazadde balina okutangira abaana baabwe okuva mu bibinja ebibi." }, { "english": "Two hundred eight girls got pregnant between January and May this year.", "luganda": "Abawala enkumi bbiri mu munaana baafuna embuto wakati wa Gatonnya ne Muzigo w'omwaka guno." }, { "english": "Girls engage in sexual activities at a young age.", "luganda": "Abawala beetaba mu nsonga z'okwegatta ku myaka emito." }, { "english": "Children should get involved in business activities during the lockdown.", "luganda": "Abaana balina okwenyigira mu mirimu egivaamu ssente mu biseera by'omuggalo." }, { "english": "Children will acquire different skills during the lockdown.", "luganda": "Abaana bajja kufuna obukugu obw'enjawulo mu biseera by'omuggalo." }, { "english": "Parents should involve children in productive activities like farming.", "luganda": "Abazadde balina okuyigiriza abaana emirimu emirungi ng'okulima." }, { "english": "District leaders are worried as many girls are likely to get pregnant.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti beeraliikirivu olw'abawala abangi aboolekedde okufuna embuto." }, { "english": "Parents should advise their daughters about the importance of abstaining from sex.", "luganda": "Abazadde balina okubuulirira abaana baabwe ku birungi ebiri mu kwewala okwegatta." }, { "english": "The district leaders will send sex education messages to the girls.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti baakuweereza obubaka obukwata ku kwegatta eri abawala." }, { "english": "The government has increased security at the border.", "luganda": "Gavumenti eyongedde obukuumi ku nsalo." }, { "english": "The government aims at eradicating criminal activities in the border areas.", "luganda": "Gavumenti eruubirira kumalawo bikolwa by'obumenyi bw'amateeka mu bitundu ebiri ku nsalo." }, { "english": "The soldiers should cooperate to ensure peace in the area.", "luganda": "Abasirikale balina okukolagana okusobola okukuuma emirembe mu kitundu." }, { "english": "The army has been able to stabilise Uganda's borders.", "luganda": "Amagye gasobodde okutebenkeza ensalo za Uganda." }, { "english": "Three people were killed in action by the Uganda people's defence forces.", "luganda": "Abantu basatu battiddwa mu kikolwa amagye ga Uganda." }, { "english": "Uganda should work with its neighbours to ensure peace in the region.", "luganda": "Uganda erina okukolagana ne baliraanwa baayo okukuuma emirembe mu kitundu." }, { "english": "Uganda exports its goods and products in neighbouring countries.", "luganda": "Uganda etunda ebyamaguzi mu nsi ezigiriraanye." }, { "english": "Leaders should reconcile for the good of the community.", "luganda": "Abakulembeze bateekeddwa okukwatagana olw'obulungi bw'ekitundu." }, { "english": "Cooperating is better than fighting.", "luganda": "Okukwataganira awamu kisinga okulwana." }, { "english": "There is unity among the people in Moyo district.", "luganda": "Waliwo obumu mu bantu ba disitulikiti y'e Moyo." }, { "english": "All student leaders had leadership training yesterday.", "luganda": "Abakulembeze b'abayizi bonna baabadde n'okutendekwa ku bukulembeze eggulo." }, { "english": "Soldiers were called upon to maintain law and order.", "luganda": "Abasirikale baayitiddwa okukuuma amateeka n'ebiragiro." }, { "english": "All East African presidents had a meeting today.", "luganda": "Bapulezidenti b'amawanga g'obuvanjuba bwa Africa babadde n'olukiiko leero." }, { "english": "The policemen apologized about their brutality.", "luganda": "Abapoliisi beetonze olw'okukozesa eryanyi." }, { "english": "He advised us to resort to peaceful demonstrations.", "luganda": "Yatuwadde amagezi okwekalakaasa mu mirembe." }, { "english": "We were all tested for tuberculosis.", "luganda": "Ffenna twakeberebwa akafuba." }, { "english": "The number of malaria patients is high.", "luganda": "Omuwendo gw'abalwadde b'omusujja gw'ensiri guli waggulu." }, { "english": "Malaria is common among youth.", "luganda": "Omusujja gw'ensiri mungi mu bavubuka." }, { "english": "She has been under self-isolation for a week.", "luganda": "Abadde mu kweyawula ku balala okumala wiiki nnamba." }, { "english": "All employees were tested for diabetes.", "luganda": "Abakozi bonna baakeberebwa obulwadde bwa ssukaali." }, { "english": "We were told to avoid crowded places.", "luganda": "Tugambibwa okwewala ebifo ebirimu omujjuzo." }, { "english": "He emphasized that we should wear our masks.", "luganda": "Yakinogaanya nti tulina okwambala obukookolo bwaffe." }, { "english": "He encouraged us to adhere to all the security measures.", "luganda": "Yatukubiriza okugoberera ebiragiro by'ebyokwerinda." }, { "english": "They decided to conduct a medical checkup.", "luganda": "Baasalawo okutegeka olusirika lw'ebyobulamu." }, { "english": "She has just recovered from malaria.", "luganda": "Yaakawona omusujja gw'ensiri." }, { "english": "People will be arrested for disrespecting the presidential directives.", "luganda": "Abantu bajja kukwatibwa olwo'kuziimuula biragiro by'omukulembeze we ggwanga." }, { "english": "The policemen were very merciless.", "luganda": "Abapoliisi tebaalina kisa wadde." }, { "english": "He died of malaria.", "luganda": "Yafa musujja gwa nsiri." }, { "english": "People dislike wearing masks.", "luganda": "Abantu tebaagala kwambala bukookolo." }, { "english": "She was arrested for not wearing a mask.", "luganda": "Yakwatibwa lwa butayambala kakookoolo." }, { "english": "There are many coronavirus disease cases.", "luganda": "Abantu abalina obulwadde bw'akawuka ka kolona bangi." }, { "english": "We are advised to sanitize as much as we can.", "luganda": "Tukubirizibwa okwetangira akawuka emirundi gyonna egisoboka." }, { "english": "The lockdown lasted six months.", "luganda": "Omuggalo gwamala emyezi mukaaga." }, { "english": "We were very happy when the lockdown was lifted.", "luganda": "Twali basanyufu nnyo ng'omuggalo guggyiddwawo." }, { "english": "Police officers are meant to arrest criminals.", "luganda": "Abapoliisi bateekeddwa okukwata abazzi b'emisango." }, { "english": "We didn't register for the event.", "luganda": "Tetwewandiisa kubaawo ku mukolo." }, { "english": "We washed our hands at the entrance.", "luganda": "Twanaaba mu ngalo ku mulyango oguyingira." }, { "english": "Many parents did not take their children for immunization.", "luganda": "Abazadde bangi tebaatwala baana baabwe kugemebwa." }, { "english": "All children must be immunized.", "luganda": "Abaana bonna balina okugemebwa." }, { "english": "She was not immunized at birth.", "luganda": "Teyagemebwa nga yaakazaalibwa." }, { "english": "Some health centres do not immunize children.", "luganda": "Amalwaliro agamu tegagema baana." }, { "english": "Parents should protect their children.", "luganda": "Abazadde balina okukuuma abaana baabwe." }, { "english": "They donated masks to the whole community.", "luganda": "Baawa ekitundu kyonna obukookolo." }, { "english": "Parents should be sensitized about the importance of immunization.", "luganda": "Abazadde balina okutegeezebwa ku mugaso gw'okugema." }, { "english": "Children suffer from immunizable diseases up to today.", "luganda": "Abaana balwala endwadde ezigemebwa okutuusa leero." }, { "english": "Many people are scared of contacting cough.", "luganda": "Abantu bangi batya okukwatibwa ekifuba." }, { "english": "Immunization is supposed to be free of charge.", "luganda": "Okugema kuteekeddwa kuba kwa bwereere." }, { "english": "The leaders donated masks to children above eight years.", "luganda": "Abakulembeze baawadde abaana abali waggulu w'emyaka omunaana obukookolo." }, { "english": "Many children were immunized this year.", "luganda": "Abaana bangi baagemebwa omwaka guno." }, { "english": "Parents were told not to pay for immunization.", "luganda": "Abazadde bagambibwa obutasasulira kugemesa." }, { "english": "Sensitization on immunization will be conducted next week.", "luganda": "Okumanyisa ku kugema kujja kukolebwa wiiki ejja." }, { "english": "More deaths have been registered today.", "luganda": "Bangi bafudde olwaleero." }, { "english": "The patient was requested to clear his hospital bills.", "luganda": "Omulwadde yasabibwa okusasula ebisale bye eby'eddwaliro." }, { "english": "All refugees were requested to register.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu basabibwa okwewandiisa ." }, { "english": "All immigrants were tested for yellow fever.", "luganda": "Abantu abayingira eggwanga bonna baakebeddwa omusujja gw'enkaka." }, { "english": "They were taken into isolation.", "luganda": "Baatwaliddwa mu kweyawula ku balala." }, { "english": "There are very many community coronavirus disease cases.", "luganda": "Abalina akawuka ka kolona bangi nnyo mu bitundu." }, { "english": "The company registered some coronavirus disease cases.", "luganda": "Kampuuni yazuuliddwamu abalwadde b'akawuka ka kolona." }, { "english": "There was no positive malaria test today.", "luganda": "Tewali azuuliddwamu musujja gwa nsiri leero." }, { "english": "We should be sensitized about communicable diseases.", "luganda": "Tulina okumanyisibwa ku ndwadde ezitukwata okuva ku bantu bannaffe." }, { "english": "We are all at risk of contracting the disease.", "luganda": "Ffenna tuli mu katyabaga k'okukwatibwa endwadde." }, { "english": "Many people do not sanitize.", "luganda": "Abantu bangi tebakozesa ddagala litta buwuka." }, { "english": "Doctors are doing their best to prevent the disease from spreading.", "luganda": "Abasawo bakola kyonna kye basobola okutangira obulwadde okusaasaana." }, { "english": "Many people have died of malaria.", "luganda": "Abantu bangi bafudde omusujja gw'ensiri." }, { "english": "They gave discounts to every buyer.", "luganda": "Buli muguzi baamusalidde ku bbeeyi." }, { "english": "Accountants donated clothes to the orphans.", "luganda": "Ababalirizi b'ebitabo baagabira bamulekwa engoye." }, { "english": "They were very kind to us.", "luganda": "Baali ba kisa nnyo gye tuli." }, { "english": "They also donated foodstuff.", "luganda": "Baagaba n'ebyokulya." }, { "english": "They donate foodstuff every year.", "luganda": "Bagaba ebyokulya buli mwaka." }, { "english": "We should support the orphans.", "luganda": "Tulina okuyamba bamulekwa." }, { "english": "Very many people volunteered to visit the orphanage.", "luganda": "Abantu bangi beewaayo okukyalira ekifo ewakuumirwa bamulekwa." }, { "english": "A new babies home is being constructed.", "luganda": "Amaka agakuumibwamu abaana kiri mu kuzimbibwa." }, { "english": "The children were very grateful to all people that donated food to them.", "luganda": "Abaana baasiima nnyo abantu bonna abaabawa emmere." }, { "english": "There are may babies homes in Uganda.", "luganda": "Amaka agalabirira abaana mangi mu Uganda." }, { "english": "Most children are in babies homes lost their parents.", "luganda": "Abaana abasinga mu bifo ebikuumirwamu abaana baafiirwako bazadde bwabwe." }, { "english": "Some children in babies homes are refugees.", "luganda": "Abaana abamu bifo omukuumirwa abaana banoonyibabubudamu." }, { "english": "Some refugees are depressed.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu abamu bennyamivu." }, { "english": "Religious leaders always support orphanages in various ways.", "luganda": "Abakulu b'enzikiriza batera okuyamba ebifo awakuumirwa bamulekwa mu ngeri ez'enjawulo." }, { "english": "My father was arrested for raping our neighbour.", "luganda": "Taata wange yakwatiddwa lwa kusobya ku muliraanwa waffe." }, { "english": "She reported the rapist to the police.", "luganda": "Yaloopye eyamusobyako ku poliisi." }, { "english": "They beat the thief to death.", "luganda": "Baakuba omubbi okutuusa lwe yafa." }, { "english": "He is admitted to the hospital.", "luganda": "Yaweereddwa ekitanda mu ddwaliro." }, { "english": "He denied his daughter food.", "luganda": "Yamma muwala we emmere." }, { "english": "Everyone has equal human rights.", "luganda": "Buli omu alina ddembe ly'obuntu eryenkanankana." }, { "english": "Some women are really brutal.", "luganda": "Abakyala abamu batulugunya." }, { "english": "They asked the magistrate to be fair.", "luganda": "Baasaba omulamuzi okuba omwenkanya." }, { "english": "They reported the murder case to the police.", "luganda": "Baawaaba omusango gw'obutemu ku poliisi." }, { "english": "The students complained about the unfairness of their headteacher.", "luganda": "Abayizi beemulugunya ku butali bwenkanya bw'omukulu w'essomero lyabwe." }, { "english": "There are very many criminals in Kampala.", "luganda": "Obuzzi bw'emisango bungi mu Kampala." }, { "english": "Many men mistreat their wives.", "luganda": "Abasajja bangi babonyaabonya bakyala baabwe." }, { "english": "I was asked to make a statement regarding the theft of my phone.", "luganda": "Nnasabibwa okukola sitatimenti ekwata ku kubbibwa kw'essimu yange." }, { "english": "We don't know when the court session will be held.", "luganda": "Tetumanyi ddi kkooti lw'enaatuula." }, { "english": "The last court session will be held today.", "luganda": "Olutuula lwa kkooti olusembayo lwa kubaayo leero." }, { "english": "The government distributed ambulances to different districts.", "luganda": "Gavumenti yagaba emmotoka ezitambuza abalwadde mu disitulikiti ez'enjawulo." }, { "english": "We were told to register at the entrance.", "luganda": "Tugambibwa okwewandiisa nga tuyingira." }, { "english": "Most of the roads have potholes.", "luganda": "Enguudo ezisinga zirimu ebinnya." }, { "english": "The ambulance needs to be repaired.", "luganda": "Emmotoka etambuza abalwadde yeetaaga kuddaabiriza." }, { "english": "More hospitals were constructed to enable easy access to health services.", "luganda": "Amalwaliro amalala gaazimbibwa okusobozesa okufuna amangu obujjanjabi." }, { "english": "They are fundraising to buy an ambulance.", "luganda": "Basonda ssente kugula mmotoka etambuza abalwadde." }, { "english": "The company hired more vehicles.", "luganda": "Kampuni yapangisizza emmotoka endala." }, { "english": "There are checkpoints at every border district.", "luganda": "Buli disitulikiti eri ku nsalo erina we bakeberera." }, { "english": "The vehicle was serviced yesterday.", "luganda": "Emmotoka yakoleddwa saviisi eggulo." }, { "english": "We expressed our grievances during the meeting.", "luganda": "Twalaze okwemulugunya kwaffe mu lukiiko." }, { "english": "There was no medicine at the health centre.", "luganda": "Tewabadde ddagala ku ddwaliro." }, { "english": "His vehicle was not insured.", "luganda": "Ekidduka kye tekyali mu yinsuwa." }, { "english": "We should respect our elders.", "luganda": "Tuteekeddwa okugondera abakulu baffe." }, { "english": "Democracy should be practised at all levels.", "luganda": "Demokulasiya ateekeddwa okugobererwa ku buli mutendera." }, { "english": "A new minister of health has been appointed.", "luganda": "Minisita w'ebyobulamu omuggya alondeddwa." }, { "english": "He spoke to me arrogantly.", "luganda": "Yayogera nange bubi nnyo." }, { "english": "We were all checked at the entrance.", "luganda": "Ffena twakeberebwa ku mulyango." }, { "english": "Animals lack enough water.", "luganda": "Ebisolo tebirina mazzi gamala." }, { "english": "There was a time when the water level in Lake Victoria was reducing.", "luganda": "Waaliwo ekiseera amazzi mu nnyanja Nalubaale bwe gaali gakendeera." }, { "english": "Arua has a poor water supply system.", "luganda": "Arua terina mbunyisa y'amazzi embi." }, { "english": "Uganda signed a convention to mark the world wetlands day.", "luganda": "Uganda yakola endagaano y'okukuza olunaku lw'entobazi mu nsi yonna." }, { "english": "Most of the countries ratified the convention.", "luganda": "Ensi ezisinga zakkiriza endagaano." }, { "english": "Encroachment on rivers will result in their drying up.", "luganda": "Okwesenza ku migga kyava ku gyo kukalira." }, { "english": "The cost of a jerrycan rose from two hundred to two thousand.", "luganda": "Ssente ezigula ekiddomola zaalinnya okuva ku bibiri okutuuka ku nkumi bbiri." }, { "english": "The government will gazette the wetlands of Enyau river.", "luganda": "Gavumenti ejja kwezza olutobazi lw'omugga Enyau." }, { "english": "The ministry of water and environment will demarcate most of the wetlands in Arua.", "luganda": "Minisitule y'amazzi n'obutonde bw'ensi ejja kulamba ensalo z'entobazi ezisinga mu Arua." }, { "english": "The leaders should enforce environment conservation laws.", "luganda": "Abakulembeze balina okuteekesa mu nkola amateeka g'okukuuma obutonde bw'ensi." }, { "english": "Wetlands control flooding.", "luganda": "Entobazi ziziyiza amataba." }, { "english": "Wetlands help to purify water.", "luganda": "Entobazi ziyamba okusengejja amazzi." }, { "english": "Human activities have discouraged the movement of water through these wetlands.", "luganda": "Emirimu egikolebwa abantu gikugidde entambula y'amazzi mu ntobazi zino." }, { "english": "People should be informed about the importance of wetlands.", "luganda": "Abantu bateekeddwa okugambibwa ku migaso gy'ebisenyi." }, { "english": "The national environment management authority should emphasize afforestation.", "luganda": "Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukuuma obutonde bw'ensi kirina okukkaatiriza okusimba emiti." }, { "english": "People have encroached on most of the wetlands in Arua district.", "luganda": "Abantu beesenzezza ku ntobazi ezisinga mu Arua" }, { "english": "The district has improved on the supply of water in the area.", "luganda": "Disitulikiti eyongedde ku ky'okubunyisa amazzi mu kitundu." }, { "english": "Drought in Arua district brought about the scarcity of water in the area.", "luganda": "Ekyeya mu disitulikiti ya Arua kyaleeta ebbula ly'amazzi mu kitundu." }, { "english": "Northern and West Nile regions experience drought from November up to march.", "luganda": "Ebitundu by'omu bukiikakkono ne West Nile bifuna ekyeya okuva mu Museenene okutuuka mu Mugulansigo." }, { "english": "The government of Uganda has allocated income towards wastewater treatment.", "luganda": "Gavumenti ya Uganda etaddewo ssente z'okulongoosa amazzi amakyafu." }, { "english": "National water and sewerage corporation is establishing a water management project.", "luganda": "Ekitongole k'amazzi ne kazambi kiteekawo pulojekiti y'okukola ku mazzi." }, { "english": "Water reservoirs have been established in the area.", "luganda": "Ebifo omuterekebwa amazzi biteekeddwawo mu kitundu." }, { "english": "National water will expand water supply by seven million litres a day.", "luganda": "Ekitongole ky'ebyamazzi kijja kwongera ku nsaasaanya y'amazzi okutuuka ku liita obukadde musanvu buli lunaku." }, { "english": "National water has increased in the size of underground water pipes.", "luganda": "Ekitongole ky'ebyamazzi kyongedde ku bunene bw'emikutu gy'amazzi egy'omu ttaka." }, { "english": "Arua attaining its city status will come with several developments.", "luganda": "Arua okufuulibwa ekibuga kijja kujja n'enkulaakulana ez'enjawulo." }, { "english": "The president promised the people of Arua a city status during campaigns.", "luganda": "Pulezidenti yasuubiza abantu ba Arua okufuula Arua ekibuga bwe yali mu kakuyege." }, { "english": "Most of the water projects will be completed in two thousand eighteen.", "luganda": "Pulozekiti z'amazzi ezisinga zijja kumalirizibwa mu nkumi bbiri mu kkumi na munaana." }, { "english": "Roads have been damaged during the installation of water pipes.", "luganda": "Enguudo zoonooneddwa mu nga bateekayo emikutu egitambuza amazzi." }, { "english": "The contractor followed legal means and procedures.", "luganda": "Eyakwata omulimu yagoberera amateeka n'emitendera." }, { "english": "The ministry of lands opened up its regional offices.", "luganda": "Minisitule y'ebyettaka yagguddewo woofiisi z'ekitundu." }, { "english": "People can no longer access loans from the banks in this Christmas season.", "luganda": "Abantu tebakyasobola kwewola mu banka mu biseera ebya ssekukkulu bino." }, { "english": "People should register their land with the ministry lands.", "luganda": "Abantu balina okuwandiisa ettaka lyabwe minisitule y'ebyettaka." }, { "english": "The ministry of lands is handling land-related matters and cases countrywide.", "luganda": "Minisitule ky'ebyettaka ekola ku ensonga wamu n'emisango egyekuusa ku ttaka okwetooloola eggwanga lyonna." }, { "english": "People will be given land titles after registration.", "luganda": "Abantu bajja kuweebwa ebyapa by'ettaka oluvannyuma lw'okwewandiisa." }, { "english": "The ministry of lands delayed opening its regional offices.", "luganda": "Minisitule y'ebyettaka yaluddewo okuggulawo woofiisi zaayo mu bitundu." }, { "english": "People were excited about the opening of the regional lands offices.", "luganda": "Abantu baali basanyufu olw'okuggulawo woofiisi z'ebyettaka mu kitundu." }, { "english": "People will be able to apply for loans because they have land as security.", "luganda": "Abantu bajja kuba basobola okusaba looni kubanga bayina ettaka ng'omusingo." }, { "english": "Banks limited the amount of money given to the people because they lacked security.", "luganda": "Banka zaakendeeza ku muwendo gw'ensimbi eziweebwa abantu olw'obutaba na musingo." }, { "english": "People have been saved from the cost of travelling to Kampala to register land.", "luganda": "Abantu bataasiddwa ebisale by'okutambula okujja e Kampala okuwandiisa ettaka." }, { "english": "People were going to incur a lot of expenses registering land from the capital city.", "luganda": "Abantu baali bagenda kusasula ssente nnyingi okuwandiisa ettaka mu kibuga ky'eggwanga ekikulu." }, { "english": "The government should allocate funds to the needy.", "luganda": "Gavumenti erina okuwa abali mu bwetaavu obuyambi." }, { "english": "The government intends to eradicate chronic poverty from the country.", "luganda": "Gavumenti eruubirira okumalawo obwavu obwensikirano mu ggwanga." }, { "english": "The government allocates twenty-five thousand shillings to elders every month.", "luganda": "Gavumenti ewa abakadde emitwalo ebiri n'ekitundu buli mwezi." }, { "english": "People engage in agricultural activities to get money.", "luganda": "Abantu beenyigira mu byobulimi okufuna ssente." }, { "english": "People have engaged in business activities to acquire income for survival.", "luganda": "Abantu beenyigira mu byobusuubuzi okufuna ssente z'okweyimirizaawo." }, { "english": "The ministry of health should carry out health extension services to the people.", "luganda": "Minisitule y'ebyobulamu erina okusembereza abantu obujjanjabi." }, { "english": "The district is not effective at monitoring and coordinating project activities.", "luganda": "Disitulikiti tekola kimala kulondoola n'okukwanaganya mirimu gya pulojekiti." }, { "english": "The government will provide support to the elders.", "luganda": "Gavumenti ejja kuwa abakadde obuyambi." }, { "english": "The president is still popular among the people.", "luganda": "Pulezidenti akyali muganzi eri abantu." }, { "english": "People wanted to be present at the nomination of the president.", "luganda": "Abantu baabadde baagala okubaawo ku kusunsulwa kwa ba pulezidenti." }, { "english": "People lack the income to meet their basic needs.", "luganda": "Abantu tebalina ssente kutuukiriza byetaago byabwe eby'obulamu obwa bulijjo." }, { "english": "People rely mostly on the support they receive from friends.", "luganda": "Abantubasinga kwesigama ku buyambi bwe bafuna mu mikwano." }, { "english": "The lady is a staunch national resistance movement supporter.", "luganda": "Omukyala muwagizi nnyo wa national resistance movement." }, { "english": "The president acquired support when he returned the people of West Nile from exile.", "luganda": "Pulezidenti yafuna obuwagizi bwe yakomawo mu bantu b'omu West Nile okuva mu buwanganguse." }, { "english": "The resident district commissioner will forward the requests of the people to the president.", "luganda": "Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti ajja kuwaayo okusaba kw'abantu eri pulezidenti." }, { "english": "There are conflicts among districts in West Nile.", "luganda": "Waliwo obukuubagano mu disitulikiti z'omu West Nile" }, { "english": "The conflicts will be solved using the colonial map to demarcate the districts.", "luganda": "Obukuubagano bujja kugonjoolwa nga bakozesa mmaapu y'abafuzi b'amatwale okulamba disitulikiti." }, { "english": "The district officials vowed to solve the challenges faced by the people in society.", "luganda": "Abakungu ba disitulikiti beeweze okugonjoola okusoomooza abantu b'ekitundu kwe basanga." }, { "english": "The district leaders had a meeting to ensure peace and stability in the area.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti baabadde n'olukiiko okulaba ng'emirembe n'obutebenkevu bibaawo mu kitundu." }, { "english": "The conflict has led to the destruction of people's property.", "luganda": "Akakuubagano kavuddemu okwonoona ebintu by'abantu." }, { "english": "The districts are having land disputes.", "luganda": "Disitulikiti zirina enkaayana z'ettaka." }, { "english": "Every district was represented by five elders in the meeting.", "luganda": "Buli disitulikiti yakiikirirwa abantu abakulu bataano mu lukiiko." }, { "english": "The leaders tasked the parliamentarian to solve the problem using the colonial map.", "luganda": "Abakulembeze baasaba omukiise mu paalamenti okugonjoola ekizibu nga yeeyambisa mmaapu y'abafuzi b'amatwale." }, { "english": "The parliamentarians promised to follow up the matter.", "luganda": "Ababaka ba paalamenti baasuubiza okugoberera ensonga." }, { "english": "Peace will prevail in the districts.", "luganda": "Emirembi gijja kubukala mu zi disitulikiti." }, { "english": "Some people lost their lives in conflicts.", "luganda": "Abantu abamu baafiirwa obulamu bwabwe mu bukuubagano." }, { "english": "People should follow the law.", "luganda": "Abantu balina okugoberera etteeka." }, { "english": "People should have respect for people's property.", "luganda": "Abantu balina okussa ekitiibwa mu bintu by'abantu." }, { "english": "The parliamentarians will obtain the colonial map from the ministry of lands.", "luganda": "Ababaka ba paalamenti bajja kufuna mmaapu y'abafuzi b'amatwale okuva mu minisitule y'ebyettaka." }, { "english": "People should respect the outcome of the boundaries within the colonial map.", "luganda": "Abantu balina okussa ekitiibwa mu binaava mu nsalosalo eziri mu mmaapu y'abafuzi b'amatwale." }, { "english": "The leaders asked the police to release the people arrested in action.", "luganda": "Abakulembeze baasaba poliisi eyimbule abantu abaakwatibwa mu musango." }, { "english": "They should use negotiation skills to avert the problem.", "luganda": "Beetaaga okukozesa obukodyo bw'enteesaganya okugonjoola ekizibu." }, { "english": "People should be united and embrace the spirit of togetherness.", "luganda": "Abantu beetaaga okubeera obumu era banyweze obumu." }, { "english": "Elders have called for stability and order in the area.", "luganda": "Abakulu basabye obutebenkevu n'okugoberera amateeka mu kitundu." }, { "english": "The conflict has been ongoing for years.", "luganda": "Akakuubagano kabaddewo okumala emyaka." }, { "english": "The conflict has encouraged robbery and theft.", "luganda": "Akakuubagano kavuddemu obwa kkondo n'obubbi." }, { "english": "People have nowhere to sleep because their houses were destroyed.", "luganda": "Abantu tebalina wa kwebaka kubanga amayumba gaabwe gaayonoonebwa." }, { "english": "Some people want to grab other people's land.", "luganda": "Abantu abamu baagala okubba ettaka ly'abalala." }, { "english": "People have engaged in fish farming.", "luganda": "Abantu beenyigidde mu kulunda ebyennyanja." }, { "english": "He has been under house arrest for twenty days.", "luganda": "Abadde yaggalirwa mu maka ge okumala ennaku abiri." }, { "english": "The district leaders should solve the problem as soon as possible.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti balina okugonjoola ekizibu amangu ddala." }, { "english": "People in West Nile engage in agricultural activities.", "luganda": "Abantu mu West Nile beenyigira mu byobulimi." }, { "english": "People's businesses have been destroyed amidst the prevailing conflicts.", "luganda": "Bizinensi z'abantu zoonooneddwa mu bukuubagano obuliwo." }, { "english": "People's lives have been affected.", "luganda": "Obulamu bw'abantu bukoseddwa." }, { "english": "The police should keep law and order.", "luganda": "Poliisi erina okuteekesa amateeka n'ebiragiro mu nkola." }, { "english": "The leaders emphasized people to ensure peace in the area.", "luganda": "Abakulembeze bakkaatiriza abantu okukuuma emirembe mu kitundu." }, { "english": "The bible says that love your neighbour as you love yourself.", "luganda": "Bbayibuliya egamba nti yagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala." }, { "english": "People should come together and support the affected families.", "luganda": "Abantu balina okukolera awamu okuyambako amaka agakoseddwa." }, { "english": "Leaders have encouraged people to work together.", "luganda": "Abakulembeze bakubirizza abantu okukolera awamu." }, { "english": "People should give the elders a chance to resolve the matter.", "luganda": "Abantu balina okuwa abakulu omukisa bagonjoole ensonga." }, { "english": "The ministry of lands should hold peace talks among the district leaders.", "luganda": "Minisitule y'ebyettaka erina okutegeka enteesaganya ez'emirembe olw'abakulembeze ba disitulikiti." }, { "english": "There is poor security in the area.", "luganda": "Ebyokwerinda bibi mu kitundu." }, { "english": "The police should deploy more police officers in the area.", "luganda": "Poliisi erina okwongera ku basajja baayo mu kitundu." }, { "english": "The police are committed to defending the border area.", "luganda": "Poliisi mmalirivu okukuuma ensalo." }, { "english": "The leaders will hold the final meeting about the matter.", "luganda": "Abakulembeze bajja kutuuza olukiiko olusembayo ku nsonga." }, { "english": "The district leaders will represent the views and opinions of their people.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti bajja kuwaayo endaba n'ebirowoozo by'abantu baabwe." }, { "english": "The leaders want to resolve the matter peacefully.", "luganda": "Abakulembeze baagala kugonjoola ensonga mu mirembe." }, { "english": "The planted signpost by the Koboko district chairman in Maracha escalated the conflict.", "luganda": "Akapande akaateekeddwawo ssentebe wa disitulikiti y'e Koboko mu Maracha kaavuddeko akakuubagano." }, { "english": "The government provided support to the people affected by the fire outbreak in Maracha district.", "luganda": "Gavumenti yawaayo obuyambi eri abantu abaakosebwa omuliro mu disitulikiti y'e Maracha." }, { "english": "Four hundred people were affected by the fire outbreak.", "luganda": "Abantu ebikumi bina baakosebwa okubalukawo kw'omuliro." }, { "english": "People in rural areas use grass for roof their houses.", "luganda": "Abantu b'omu byalo bakozesa muddo okusereka ennyumba zaabwe." }, { "english": "The government donated relief items to the refugees.", "luganda": "Gavumenti yawaayo obuyambi eri abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "The minister donated food to the vulnerable.", "luganda": "Minisita yawaayo emmere eri abateesobola." }, { "english": "Landslides swept through our neighbouring village following a heavy downpour.", "luganda": "Ettaka eryabumbulukuka lyasaanyaawo ekyalo ekituliraanye oluvannyuma lw'enkuba ennyingi eyatonnya." }, { "english": "Police are investigating the cause of the fire.", "luganda": "Poliisi eri mu kunoonyereza ekyavuddeko omuliro." }, { "english": "Physical distancing can prevent the spread of coronavirus disease.", "luganda": "Okwewa amabanga kisobola okutangira okusaasaana kw'akawuka ka kolona." }, { "english": "Village leaders will be responsible for distributing the resources.", "luganda": "Omukulembeze w'ekyalo ajja kuvunaanyizibwa ku kugaba obuyambi." }, { "english": "The organisation over the weekend distributed relief items to landslide victims.", "luganda": "Ekitongole kya ssabbiiti kyagabidde abaakosebwa okubumbulukuka kw'ettaka obuyambi." }, { "english": "He diverted the church funds to personal use.", "luganda": "Ssente z'ekkanisa yazizza mu bibye." }, { "english": "Children and the elderly will benefit from government donations.", "luganda": "Abaana n'abakadde bajja kuganyulwa mu buyambi bwa gavumenti." }, { "english": "The woman leader urged the organization to donate more relief items to refugees.", "luganda": "Omukulembeze w'abakyala yasaba ekitongole okwongera okugaba ebintu ebirala eri abanoonyiboobubudamu." }, { "english": "Floods destroyed people's homes.", "luganda": "Amataba gaayonoona amaka g'abantu." }, { "english": "The community was happy and excited about the donation they received.", "luganda": "Abantu baali basanyufu olw'obuyambi bwe baafuna." }, { "english": "My noisy neighbours are ruining my life.", "luganda": "Baliraanwa bange abawoggana bakosa obulamu bwange." }, { "english": "Fire outbreaks in Uganda normally occur at night.", "luganda": "Okubalukawo kw'omuliro mu Uganda kutera kubaawo kiro." }, { "english": "The police dispersed the youths in the trading centre.", "luganda": "Poliisi yagumbuludde abavubuka mu kabuga." }, { "english": "Thousands of people crowded his compound after his release.", "luganda": "Enkumi n'enkumi z'abantu zeeyiwa mu luggya lwe oluvannyuma lw'okuteebwa." }, { "english": "People within and outside the district moved to his home on hearing his arrival.", "luganda": "Abantu kuno n'ebweru wa disitulikiti beeyiwa mu maka ge nga bawulidde nti akomyewo." }, { "english": "The president requested people to pray from home because God is everywhere.", "luganda": "Pulezidenti yasaba abantu basabire ewaka kubanga Katonda ali buli wamu." }, { "english": "The officers urged people to stay home to avoid the spread of Coronavirus.", "luganda": "Omukungu yasabye abantu okusigala awaka okutangira ensaasaanya y'akawuka ka kolona." }, { "english": "In Uganda places of worship were shut down during the coronavirus outbreak.", "luganda": "Mu Uganda amasinzizo gaggalwawo mu biseera by'okubalukawo kw'akawuka ka kolona." }, { "english": "People who were moving during curfew hours were brutally beaten by police officers.", "luganda": "Abantu abaatambulanga mu budde bwa kafyu baakubibwanga bubi nnyo abapoliisi." }, { "english": "Catholics all over the world are reciting the holy rosary throughout this month.", "luganda": "Abakatoliki okwetooloola nsi yonna basoma ssappule omwezi guno gwonna." }, { "english": "Two years have passed since the holy pope visited Uganda.", "luganda": "Emyaka ebiri giyiseewo okuva omutukuvu ppaapa lwe yakyalira Uganda." }, { "english": "Praying and fasting yield miracles to Christian believers.", "luganda": "Okusaba n'okusiiba kuvaamu eby'amagero eri abakulisitaayo abakkiriza." }, { "english": "My brother has been a church choir member for ten years.", "luganda": "Muganda wange omulenzi abadde mmemba wa kwaya y'ekkanisa okumala emyaka kkumi." }, { "english": "The woman leader informed people about protective measures of the coronavirus.", "luganda": "Nnaabakyala yategeeza abantu ku ngeri gye bayinza okwetangiramu akawuka ka kolona." }, { "english": "There is a water shortage in our home area.", "luganda": "Waliwo ebbula ly'amazzi mu kitundu kyaffe." }, { "english": "It is our neighbouring country.", "luganda": "Ly'eggwanga erituliraanye." }, { "english": "How can we stop the spread of the Coronavirus disease in our country?", "luganda": "Tuyinza kukomya tutya okusaasaana kirwadde ky'akawuka ka kolona mu ggwanga lyaffe?" }, { "english": "Large crowds and crowded places should be avoided to prevent the illness spread.", "luganda": "Ebibinja by'abantu abangi n'ebifo by'omujjuzo birina okwewalibwa okutangira obulabe okusaasaana." }, { "english": "People in that district have a problem with water accessibility.", "luganda": "Abantu mu disitulikiti eyo balina ekizibu ky'okufuna amazzi." }, { "english": "Women and children walked for a long distance to get clean water.", "luganda": "Abakyala n'abaana baatambudde olugendo oluwanvu okufuna amazzi amayonjo." }, { "english": "A new borehole is under construction in the town trading centre.", "luganda": "Nnayikondo empya ezimbibwa mu kabuga." }, { "english": "Coronavirus infections have increased in Uganda.", "luganda": "Abalwadde b'akawuka ka kolona beeyongedde mu Uganda." }, { "english": "The government donated free food to the people during the lockdown.", "luganda": "Gavumenti yawa abantu emmere ey'obwereere mu biseera by'omuggalo." }, { "english": "District leaders were ordered to repair boreholes in their areas.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti baalagiddwa okuddaabiriza zi nnayikondo mu bitundu byabwe." }, { "english": "Hand washing is one of the ways to prevent the spread of the virus.", "luganda": "Okunaaba mu ngalo y'emu ku ngeri z'okutangira okusaasaana k'akawuka ka kolona." }, { "english": "The district engineer promised the availability of water in all areas by next year.", "luganda": "Yinginiya wa disitulikiti yasuubiza ebitundu byonna okubaamu amazzi omwaka ogujja." }, { "english": "Due to the coronavirus outbreak all entry points into the country were closed.", "luganda": "Olw'okubalukawo kw'akawuka ka kolona ebifo byonna ebiyingiza abantu mu ggwanga byaggalwa." }, { "english": "There is a screening of truck drivers when entering the country.", "luganda": "Waliwo okukeberebwa kw'abavuzi ba biroole nga bayingira eggwanga." }, { "english": "Non-Ugandans who tested positive for corona were sent back to their respective countries.", "luganda": "Abagwira abaazuuliddwamu kolona baddiziddwayo mu nsi zaabwe gye bava." }, { "english": "Refugees from neighbouring countries are free to come into Uganda.", "luganda": "Abanoonyiboobubudamu okuva mu nsi eziriraanyeewo ba ddembe okujja mu Uganda." }, { "english": "Every year thousands of people flock into Uganda illegally.", "luganda": "Bulk mwaka nkumi n'enkumi z'abantu bayingira Uganda mu bumenyi bw'amateeka." }, { "english": "We have thirty-four confirmed cases of the disease from our country.", "luganda": "Tulina abantu asatu mu bana abazuuliddwamu obulwadde mu ggwanga lyaffe." }, { "english": "Two health workers tested positive for the virus.", "luganda": "Abasawo babiri baazuuliddwamu akawuka." }, { "english": "International organizations are training health workers on how to handle infected patients.", "luganda": "Ebitongole by'ensi yonna bitendeka abasawo ku ngeri gye bayinza okukwatamu abalwadde." }, { "english": "She said: all the health workers require knowledge and skills to protect themselves.", "luganda": "Yagamba: abasawo bonna beetaaga amagezi n'obukodyo okwekuuma." }, { "english": "Health workers will receive free transport to health centres.", "luganda": "Abasawo bajja kufuna entambula ey'obwereere okutuuka ku malwaliro." }, { "english": "Laboratory assistants are unsung heroes during the pandemic.", "luganda": "Abayambako mu makeberere bazira abatoogerwako mu mu kaseera k'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "Health workers need to know the prevention and treatment of the virus.", "luganda": "Abasawo beetaaga okumanya eneetangira n'enzijanjaba y'akawuka." }, { "english": "Hospital cleaners are more exposed to the virus.", "luganda": "Abalongoosa mu amalwariro bali mmyo mu katyabaga k'okufuna akawuka." }, { "english": "Antenatal care helps women to prepare for delivery.", "luganda": "Ebikolebwa ku mukyala ow'olubuto gye banywera eddagala kiyamba abakazi okwetegekera okuzaala obulungi." }, { "english": "Everyone should wear a face mask.", "luganda": "Buli omu alina okwambala akakookolo." }, { "english": "That hospital director has organised care training for all staff members.", "luganda": "Nannyini ddwaliro oyo ategeseewo okutendekebwa kw'abakozi bonna ku nkwata y'abalwadde." }, { "english": "There is ignorance about the disease among the community.", "luganda": "Waliwo obutamanya mu bantu ku kirwadde." }, { "english": "The district task force didn't have enough funds to train all health workers.", "luganda": "Akakiiko ka disitulikiti akadduukirize tekaalina buyambi bumala okutendeka abasawo bonna." }, { "english": "At least two hundred people have been left homeless after fire destroyed their homes.", "luganda": "Kyenkana abantu enkumi bbiri balekeddwa nga tebalina we babeera oluvannyuma lw'omuliro okusaanyaawo amaka gaabwe." }, { "english": "There is a high risk in the spread of infectious diseases.", "luganda": "Akatyabaga kangi ak'okusaasaana kw'endwadde ezisiigibwa okuva ku bantu." }, { "english": "The fire started around midnight.", "luganda": "Omuliro gwatandise awo nga mu matumbi g'obudde." }, { "english": "The cause of fire outbreaks at schools is not known.", "luganda": "Ekiviirako okubalukawo kw'omuliro mu masomero tekimanyiddwa." }, { "english": "Some of the houses built in Uganda are of poor quality.", "luganda": "Ezimu ku nnyumba ezizimbibwa mu Uganda za mutindo mubi." }, { "english": "Fire spreads easily between closely spaced thatched buildings.", "luganda": "Omuliro gusaasaana mangu mu nnyumba ez'essubi eziriraanaganye." }, { "english": "Local leaders should not be blamed for the fire outbreaks.", "luganda": "Abakulembeze b'ebyalo tebalina kunenyezebwa ku kubaluka kw'omuliro." }, { "english": "There is unity among people in our community.", "luganda": "Abantu balina obumu mu kitundu." }, { "english": "People need basic needs to survive this tough season.", "luganda": "Abantu beetaaga ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo okusobola okuyita mu mbeera eno enzibu." }, { "english": "The government has donated iron sheets to the affected people.", "luganda": "Gavumenti ewadde abantu abaakoseddwa amabaati." }, { "english": "The district leaders have not given any support to the fire victims.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti tebawadde bantu baakoseddwa muliro buyambi bwonna." }, { "english": "The fire burnt down my neighbour's house last week.", "luganda": "Omuliro gwasaanyizzaawo enju ya muliraanwa wange wiiki ewedde." }, { "english": "The poor electrical wiring caused the fire in the building.", "luganda": "Okuyungibwa kw'amasannyalaze okubi kwavuddeko omuliro mu kizimbe." }, { "english": "A lot of people's properties were destroyed in the fire.", "luganda": "Ebintu by'abantu bingi byayonoonekedde mu muliro." }, { "english": "Some people got injured by the fire.", "luganda": "Abantu abamu baafunye obuvune bw'omuliro." }, { "english": "The firefighters' team tried their best to save some items.", "luganda": "Abazinyamwoto baagezaako kye basoboka okutaasa ebintu ebimu." }, { "english": "The landlord has advised his tenants to use authorized electricians in the wiring.", "luganda": "Nnannyini nnyumba yawadde abapangisa amagezi okukozesa abaamasannyalaze abakkirizibwa mu kuyunga waya." }, { "english": "His neighbours helped a lot in stopping the fire from spreading.", "luganda": "Baliraanwa be baayamba nnyo mu kutangira omuliro okusaasaana." }, { "english": "The minister promised financial aid to all people affected by the fire.", "luganda": "Minisita yasuubiza obuyambi bw'ensimbi eri abantu bonna abaakosebwa omuliro." }, { "english": "Police have arrested all unauthorized electricians in the community.", "luganda": "Poliisi ekutte ab'amasannyalaze bonna abatali mu mateeka mu kitundu." }, { "english": "Several buildings in this community have caught fire this year.", "luganda": "Ebizimbe eby'enjawulo mu kitundu kino byokyeddwa omuliro omwaka guno." }, { "english": "They allocated less money to the city last year.", "luganda": "Disitulikiti yawa ekibuga ssente ntono okubunyisa amasannyalaze omwaka oguwedde." }, { "english": "Our district leader is so committed to serving the people.", "luganda": "Omukulembeze wa disitulikiti yaffe mumalirivu nnyo okuweereza abantu." }, { "english": "The district has built new classrooms in all government schools in the community.", "luganda": "Disitulikiti ezimbye abibiina ebipya mu masomero ga gavumenti gonna mu kitundu." }, { "english": "Salaries of civil servants have been raised during this financial year.", "luganda": "Emisaala gy'abakozi ba gavumenti gyongezeddwa mu mwaka gw'ebyensimbi guno." }, { "english": "The district committee has urged traders to pay their license fees on time.", "luganda": "Akakiiko ka disitulikiti kasabye abasuubuzi okusasula ensimbi zaabwe eza layisinsi mu budde." }, { "english": "All council meetings have been postponed due to the pandemic.", "luganda": "Enkiiko z'akakiiko zonna zongezeddwayo olw'ekirwadde bbunansi." }, { "english": "The pandemic has greatly affected this years' district service delivery.", "luganda": "Ekirwadde bbunansi kikosezza nnyo obuweereza bwa disitulikiti omwaka guno." }, { "english": "Due to the pandemic the ministry allows only two hundred people in the church.", "luganda": "Olw'ekirwadde bbunansi minisitule ekkiriza abantu ebikumi bibiri bokka mu kkanisa." }, { "english": "All committee members should wear face masks to prevent the spread of the virus.", "luganda": "Bammemba b'akakiiko bonna balina okwamba obukookolo okutangira okusaasaana kw'akawuka." }, { "english": "The financial years' budget will be ready next week.", "luganda": "Embalirira y'omwaka gw'ebyensimbi ejja kuba eweddw wiiki ejja." }, { "english": "The district budget is mostly funded by the business people.", "luganda": "Embalirira ya disitulikiti esinga kuvujjirirwa basuubuzi." }, { "english": "The district has advertised new jobs in the newspapers.", "luganda": "Disitulikiti eranze emirimu emipya mu mpapula z'amawulire." }, { "english": "The government collects over seven hundred million Uganda Shillings from taxpayers annually.", "luganda": "Bakungaanya miliyoni za Uganda ezisukka mu lusanvu okuva mu musolo omwaka." }, { "english": "A portion of this money is spent on improving health services.", "luganda": "Ekitundu ku ssente zino zisaasaanyizibwa mu kutumbula byabulamu." }, { "english": "The committee chairman calls for transparency during the allocation of these funds.", "luganda": "Ssentebe w'akakiiko asabye obwerufu mu ngabanya y'obuyambi buno." }, { "english": "Government funds talent developing activities in schools.", "luganda": "Gavumenti eteeka ssente mu kutumbula ebitone mu masomero." }, { "english": "All schools are to participate in the district music competitions without fail.", "luganda": "Amasomero gonna ga kwetaba mu mpaka z'okuyimba awatali kulemererwa." }, { "english": "Sports activities in our school are done in the second term.", "luganda": "Ebyemizannyo mu ssomero lyaffe bikolebwa mu lusoma olwokubiri." }, { "english": "Teachers play a greater role in training pupils in sports activities.", "luganda": "Abasomesa bakola omulimu gwa maanyi mu kutendeka abayizi ebyemizannyo." }, { "english": "Our sports teacher has been transferred to the neighbouring school.", "luganda": "Omusomesa waffe ow'ebyemizannyo akyusiddwa n'atwalibwa ku ssomero erituliraanye." }, { "english": "The district sports team reached the finals last year.", "luganda": "Ttiimu y'ebyemizannyo eya disitulikiti yatuuka ku mpaka z'akamalirizo omwaka oguwedde." }, { "english": "We are expecting a better performance in this year's sports competition.", "luganda": "Tusuubira okukola obulungi mu mpaka z'ebyemizannyo omwaka guno." }, { "english": "It is important to sensitize the community against conflicts.", "luganda": "Kikulu okubangula abantu ku kabi akali mu kulwanagana." }, { "english": "They need to observe the sabbath day.", "luganda": "Balina okukwata olunaku lwa ssabbiiti." }, { "english": "They have not been paid like other regular soldiers despite the services rendered.", "luganda": "Tebasasuddwa bulungi ng'abasirikale abalala wadde nga baakola omulimu munene." }, { "english": "They are not considered for loans yet other soldiers can access them.", "luganda": "Tebaweebwa mabanja wadde nga bo abasirikale abalala baweebwa." }, { "english": "Their only vehicle was not replaced last year.", "luganda": "Emmotoka emu yokka gye baalina tebaagizzaawo omwaka oguwedde." }, { "english": "The government is reluctant to provide them with adequate security.", "luganda": "Gavumenti tefuddeeyo kubawa bukuumi bumala." }, { "english": "Their colleagues died in vain because to date nobody has ever been arrested.", "luganda": "Bannaabwe baafiira bwereere kubanga n'okutuusa kati tewali muntu yenna yali akwatiddwa." }, { "english": "There is discrimination in that school.", "luganda": "Mu ssomero eryo mulimu obusosoze." }, { "english": "Security circles fear that the former rebels might be lured into bad activities.", "luganda": "Ab'eby'okwerinda batya nti abo abaaliko abayeekera bayinza okusendebwasendebwa okwenyigira mu bikolwa ebibi." }, { "english": "Some of their colleagues are languishing in harsh conditions of prison.", "luganda": "Abamu ku bannaabwe babonaabonera mu makomera." }, { "english": "Nothing has changed apart from the venue.", "luganda": "Tewali kikyuse okuggyako ekifo." }, { "english": "They accuse the government of not providing the support they need.", "luganda": "Balumiriza gavumenti olw'obutabawa buyambi bwe beetaaga." }, { "english": "They are sent upcountry for an operation without prior notification.", "luganda": "Basindikibwa okugenda okulwana awatali kusooka kutemezebwako." }, { "english": "The government has not motivated the teachers.", "luganda": "Gavumenti tewadde basomesa maanyi." }, { "english": "No help is given to their family when they die.", "luganda": "Tewali buyambi buweebwa ba mu maka gaabwe nga bafudde." }, { "english": "The government does not seem to care about orphans.", "luganda": "Kirabika gavumenti tefaayo ku bamulekwa." }, { "english": "There is prolonged detention of prisoners.", "luganda": "Abasibe bakuumirwa mu kkomera okumala ebbanga ddene." }, { "english": "They have always been subjected to hard work.", "luganda": "Bakozesebwa emirimu egy'amaanyi ennyo." }, { "english": "Many of the prisoners are waiting to appear in court.", "luganda": "Bangi ku basibe balindirira okutwalibwa mu kkooti." }, { "english": "The prisoners remain hopeful that they will be released one day.", "luganda": "Abasibe basigala basuubira nti luliba lumu ne bateebwa." }, { "english": "To date the teacher has not been released.", "luganda": "N'okutuusa leero omusomesa oyo tateebwanga." }, { "english": "They provided recommendations on how to treat the prisoners.", "luganda": "Baawa amagezi ku ngeri y'okuyisaamu abasibe." }, { "english": "They wanted to change the working environment of the teachers.", "luganda": "Baali baagala okukyusa embeera abasomesa mwe bakolera." }, { "english": "It is important to work hard in school.", "luganda": "Kikulu okukola n'obunyiikivu ku ssomero." }, { "english": "We shall formalize their job descriptions.", "luganda": "Tujja kulambika bulungi ebikwata ku mulimu gwabwe." }, { "english": "Students should review their work every day.", "luganda": "Abayizi basaanidde okuddamu okutunula mu bye basomye buli lunaku." }, { "english": "We need to improve the current security situation.", "luganda": "Twetaaga okulongoosa mu mbeera y'eby'okwerinda eriwo." }, { "english": "Prisoners need the freedom to see their families.", "luganda": "Abasibe basaanidde okukkirizibwa okulaba ab'enganda zaabwe." }, { "english": "Their response to security threats was remarkable.", "luganda": "Engeri gye baasitukiramu okunyweza eby'okwerinda yeewuunyisa." }, { "english": "The Muslim youths were represented at the meeting.", "luganda": "Abavubuka abasiramu baakiikirirwa mu lukungaana." }, { "english": "Both families should be helped by the government.", "luganda": "Ab'omu maka ago gombi gavumenti esaanidde okubayamba." }, { "english": "Adults should be allowed to be independent.", "luganda": "Abantu abakulu basaanidde okuweebwa eddembe okwetwala." }, { "english": "The government should act now to end gender-based violence.", "luganda": "Gavumenti erina okubaako ky'ekolawo kati okumalawo ebikolwa eby'obukambwe ebiva ku kikula ky'abantu." }, { "english": "Muslim youths meet at least five times a day during prayers.", "luganda": "Abavubuka abasiraamu basisinkana emirundi ng'etaano buli lunaku mu kusaala." }, { "english": "Government should come up with a program to engage the youth.", "luganda": "Gavumenti erina okuteekawo enkola esobozesa abavubuka okwenyigira mu mirimu." }, { "english": "The soldiers should be convinced to stop fighting.", "luganda": "Abasirikale balina okuyambibwa okukiraba nti beetaaga okulekera awo okulwana." }, { "english": "The package given by the commission was too small.", "luganda": "Ssente ezaabaweebwa zaali ntono." }, { "english": "The foreign funders are willing to help the refugees.", "luganda": "Abantu abamu ab'ebweru beetegefu okuyamba abanoonyi b'obubudamu." }, { "english": "The government should be able to help the orphans.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okuyamba bamulekwa." }, { "english": "The children have been misunderstood.", "luganda": "Abaana tebabategedde bulungi." }, { "english": "The government should come out to sort out the confusion.", "luganda": "Gavumenti erina okuvaayo okugonjoola obutategeeragana." }, { "english": "Mankind should put an end to war.", "luganda": "Abantu basaanidde okukomya entalo." }, { "english": "Some of the contents contained in the document were not terrifying.", "luganda": "Ebimu ku bintu ebyabadde mu kiwandiiko byabadde tebitiisa." }, { "english": "This may cause clarity on the current situation.", "luganda": "Ekyo kiyinza okutangaaza ku mbeera eriwo." }, { "english": "The soldiers were denied loans.", "luganda": "Abasirikale baagaanye okubawola ssente." }, { "english": "Nothing has changed apart from the venue.", "luganda": "Tewali kikyuse okuggyako ekifo." }, { "english": "The group needs to be penetrated to know their plans.", "luganda": "Kyetaagisa okubayingiramu ne bamanya enteekateeka zaabwe." }, { "english": "They can be responsible for disciplinary actions.", "luganda": "Bayinza okukwasibwa obuvunaanyizibwa obw'okukangavvula." }, { "english": "Former reporters will be allowed to operate in the country.", "luganda": "Abaaliko abayeekera bajja kukkirizibwa okukolera emirimu gyabwe mu ggwanga." }, { "english": "It is important to find out whether all the members of this group are genuine beneficiaries.", "luganda": "Kikulu okumanya obanga bonna abali mu kibinja ekyo ddala bagwana okuganyulwa mu nteekateeka eno." }, { "english": "This will help to get rid of pretenders in the school.", "luganda": "Ekyo kijja kuyamba mu kusunsulamu abeerimbise obwerimbisi mu ssomero." }, { "english": "The board called me back for an interview.", "luganda": "Ab'oku kakiiko bampita okumbuuza ebibuuzo." }, { "english": "One thought that my decision to leave at that time was not wise.", "luganda": "Omu yalowooza nti nze okusalawo okugenda mu kiseera ekyo tekyali kya magezi." }, { "english": "There is no error I have made simply because I have never made a decision alone.", "luganda": "Tewali nsobi gye nkoze kubanga bye nsalawo sibisalawo nzekka." }, { "english": "We have worked together with my employees.", "luganda": "Tukoledde wamu n'abakozi bange." }, { "english": "Given an opportunity what would you do differently?", "luganda": "Singa oweebwa akakisa kiki kye wandikyusizzaamu?" }, { "english": "The first step was to share the profits in the savings group.", "luganda": "Omutendera ogusooka gwali gwa kugabana amagoba n'abali mu kibinja ekiterekera awamu ssente." }, { "english": "I think one hundred to one was not a very wise deal.", "luganda": "Ndowooza okugabana ebitundu kikumi ku kimu takyali kya magezi." }, { "english": "My view is that our share price should have been ten to one instead of one hundred to one.", "luganda": "Ndowooza nti twandibadde tugabana ebitundu kkumi ku kimu mu kifo ky'ebitundu kikumi ku kimu." }, { "english": "There are decisions which the company took at the shareholder level which I think were not wise.", "luganda": "Waliwo ebintu kampuni bye yasalawo ng'eri wamu n'abalinamu emigabo bye ndowooza nti tebyali birungi." }, { "english": "Why are you leaving when the company is making profits?", "luganda": "Lwaki ova mu kampuni ate ng'ekola amagoba?" }, { "english": "I was involved in forming that organization.", "luganda": "Nze omu ku baatandikawo ekibiina ekyo." }, { "english": "The losses which we made last year are expected.", "luganda": "Ssente ze twafiirwa omwaka oguwedde twali tusuubira okuzifiirwa." }, { "english": "The losses are arising out of a major investment in the oil sector.", "luganda": "Okufiirwa okwo kuva ku kuba nti tutadde ssente nnyingi mu by'amafuta." }, { "english": "In businesses it is expected to make losses.", "luganda": "Bw'oba okola bizineesi oba osuubira n'okufiirwa." }, { "english": "We expected to make a loss this year in the business.", "luganda": "Tusuubira okufiirwa ssente mu bizineesi omwaka guno." }, { "english": "Won’t you miss the party?", "luganda": "Toosubwe kabaga?" }, { "english": "The organization has made profits in the last season.", "luganda": "Ekibiina ky'akola amagoba mu kiseera ekiyise." }, { "english": "We should be able to compete very well in the market.", "luganda": "Tusaanidde okuba nga tusobola okuvuganya obulungi mu katale." }, { "english": "What were your best memories in school?", "luganda": "Biki by'ojjukira bwe wali okyasoma ebisinga okukusanyusa?" }, { "english": "What has been your management style?", "luganda": "Nkola ki gy'obadde okozesa okuddukanya bizineesi ?" }, { "english": "I have invested a lot of energy and money to make sure that we have good employees.", "luganda": "Ntaddemu amaanyi mangi ne ssente nnyingi okukasa nti tufuna abakozi abalungi." }, { "english": "First I make sure I have a team to compete on Saturday.", "luganda": "Ekisooka nkakasa nti mba ne ttiimu esobola okuvuganya ku Lwomukaaga." }, { "english": "We should ensure that we work as a team.", "luganda": "Tusaanidde okukakasa nti tukola nga ttiimu." }, { "english": "I try to work out and keep fit every day.", "luganda": "Bulijjo nfuba okukola dduyiro n'okukuumira omubiri gwange mu mbeera ennungi." }, { "english": "Why are retiring from the job?", "luganda": "Lwaki olese omulimu ogwo?" }, { "english": "The company requires a change in management.", "luganda": "Kampuni yeetaagisa wabeewo enkyukakyuka mu bagiddukanya." }, { "english": "l have a vision of what I want to do.", "luganda": "Mmanyi kye njagala okukola." }, { "english": "Many people think retirement is about accumulating money in the bank.", "luganda": "Abantu bangi balowooza nti omuntu okuwummula ku mulimu kitegeeza kuba na ssente nnyingi mu bbanka." }, { "english": "I do not believe people who think of accumulating wealth as a means of happiness.", "luganda": "Sikkiriza nti okukungaanya eby'obugagga ebingi kye kiwa omuntu essanyu." }, { "english": "I am retiring without that accumulation of wealth.", "luganda": "Mpumudde emirimu nga sirina ssente nnyingi." }, { "english": "I have invested a bit in tree planting.", "luganda": "Nnina ssente ze ntadde mu kusimba emiti." }, { "english": "You are accused of killing off your competitors.", "luganda": "Waliwo abagamba nti obadde olemesa abo abakuvuganya." }, { "english": "To be honest I do not think our competitors can manage.", "luganda": "Ekituufu kiri nti sirowooza nti waliwo abadde asobola okutuvuganya." }, { "english": "They do not motivate their workers.", "luganda": "Tebawa bakozi baabwe maanyi gakola." }, { "english": "Many of their employees have left the organization.", "luganda": "Bangi ku bakozi baabwe baleseewo emirimu ne bagenda." }, { "english": "If our competitors are too jubilate they will be making a mistake.", "luganda": "Abatuvuganya bwe bagezaako okujaganya bajja kuba bakoze nsobi." }, { "english": "They brought bonds from the bank.", "luganda": "Baagula bbondi mu bbanka." }, { "english": "The bank has plans to issue another eighty billion shillings for bonds.", "luganda": "Bbanka erina enteekateeka ez'okuta obuwumbi obulala munaana bukozesebwe ku bbondi." }, { "english": "The technology allows faster mobile Internet connections.", "luganda": "Tekinologiya ayongera ku sipiidi ya intaneeti ku masimu ne ku bukompyuta obw'omu ngalo." }, { "english": "Investment club group members should always work together.", "luganda": "Abali mu kibiina ky'abassa ssente mu bizineesi bulijjo basaanidde okukolagana obulungi." }, { "english": "To qualify for the prestigious award the bank was rated on key performance indicators.", "luganda": "Okusobola okuwangula ekirabo ekyo bangi kye beegwanyiza waliwo ebintu ebikulu ebyatunuulirwa ku bbanka eyo." }, { "english": "It is important to have information sources for making investments.", "luganda": "Kikulu okuba ne w'ojja obubaka obukwata ku bizineesi ezisobola okuteekebwamu ssente." }, { "english": "It is not liable to pay stamp duty in Uganda.", "luganda": "Mu Uganda tebatera kusasula musolo ku bintu gamba ng'ettaka n'amayumba." }, { "english": "He should address the common misunderstandings in the company.", "luganda": "Alina okugonjoola obutategeeragana obutera okubaawo mu kampuni." }, { "english": "The job of the leader is to understand and bear with the competitions.", "luganda": "Oyo akulembera buvunaanyizibwa bwe okutegeera okuvuganya okuliwo n'okukwanganga." }, { "english": "Managers should be able to find a market for their products.", "luganda": "Bamaneja basaanidde okuzuula obutale gye banaatunda ebintu byabwe." }, { "english": "Competition is always good for businesses.", "luganda": "Okuvuganya kuyamba bizineesi okukula." }, { "english": "There should be interaction among employees in a business.", "luganda": "Abakozi mu bizineesi basaanidde okuba n'enkolagana ennungi era nga bawuliziganya bulungi." }, { "english": "Industries are always different but they all aim to make money.", "luganda": "Amakolero gaba gaawukana naye gonna gaba na kiruubirirwa kya kukola ssente." }, { "english": "The structure of organizations is important.", "luganda": "Entegeka y'ebibiina nkulu." }, { "english": "Companies should be able to make profits at the end of the year.", "luganda": "Omwaka we guggwerako kampuni zirina okuba nga zisobodde okukola amagoba." }, { "english": "Software companies are always profitable.", "luganda": "Kampuni ezikola programu za kompyuta bulijjo zikola amagoba." }, { "english": "The structure of industries drives competition and profitability.", "luganda": "Engeri amakolero gye gaba gaddukanyizibwamu y'egasobozesa okuvuganya n'okukola amagoba." }, { "english": "Several factors can affect the profitability of textile industries.", "luganda": "Ebintu ebitali bimu birina kye bikola ku magoba ga kampuni z'engoye." }, { "english": "There are several underlying factors that led to the collapse of the company.", "luganda": "Waliwo ebintu ebitali bimu ebyaviirako kampuni okugwa." }, { "english": "The demand for oxygen in hospitals is overwhelming.", "luganda": "Waliwo obwetaavu bwa maanyi obw'omukka gwa oxygen mu malwaliro." }, { "english": "The manager should understand the structure of his company.", "luganda": "Maneja alina okutegeera engeri kampuni ye gy'etegekeddwamu." }, { "english": "The layout of the organizations is always different.", "luganda": "Engeri ebibiina gye bitegekebwamu eyawukana." }, { "english": "The attacks should not happen again.", "luganda": "Obulumbaganyi obwo tebusaanidde kuddamu kubaawo." }, { "english": "It is good for us to always be together.", "luganda": "Kirungi nnyo gye tuli okubeerangako awamu." }, { "english": "We are also different in the way we think.", "luganda": "Era twawukana mu ndowooza." }, { "english": "The wrong groups should be sent to prison.", "luganda": "Abantu ababi basaanidde okusibibwa mu kkomera." }, { "english": "Some things that happen in Nansana should be respected.", "luganda": "Ebintu ebimu ebibeera e Nansana bisaanidde okussibwamu ekitiibwa." }, { "english": "We should always rest our minds at night.", "luganda": "Bulijjo tusaanidde okuwummuza ebirowoozo byaffe ekiro." }, { "english": "It is not right to kill someone.", "luganda": "Kikyamu okutta omuntu." }, { "english": "The police should arrest all the terrorists.", "luganda": "Poliisi esaanidde okukwata abatujju bonna." }, { "english": "He has experience in the banking sector.", "luganda": "Alina obumanyirivu mu bya bbanka." }, { "english": "There is a need to have good communication skills in the organization.", "luganda": "Kikulu okuba n'empuliziganya ennungi mu kibiina." }, { "english": "It is good to always have peaceful elections.", "luganda": "Kiba kirungi okuba n'okulonda okw'emirembe." }, { "english": "Presidential term limits were removed from the constitution.", "luganda": "Baggya ekkomo ku bisanja bya pulezidenti mu ssemateeka." }, { "english": "Right now elections have no real consequences.", "luganda": "Kati okulonda tekulina nnyo makulu." }, { "english": "The Electoral Commission has lost trust because people do not trust it.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'okulonda tekyesigika kubanga abantu tebakyesiga." }, { "english": "A political party should always have strong candidates.", "luganda": "Ekibiina ky'eby'obufuzi kirina okuba n'abeesimbyewo abanywevu." }, { "english": "The people in power should be very kind-hearted.", "luganda": "Abantu abali mu buyinza basaanidde okuba ab'ekisa." }, { "english": "In many counties people are restricted from participating in political campaigns.", "luganda": "Mu mawanga mangi abantu bakugirwa okwenyigira mu kampeyini z'eby'obufuzi." }, { "english": "The army always has many enemies.", "luganda": "Bulijjo amagye gabeera n'abalabe bangi." }, { "english": "There are many lost souls in the world.", "luganda": "Waliwo abantu bangi mu nsi abasobeddwa nga tebamanyi kyakukola." }, { "english": "This situation should not be allowed to happen.", "luganda": "Embeera eno tesaanidde kukkirizibwa kubaawo." }, { "english": "The youth will lead the reconstruction programs in the county.", "luganda": "Abavubuka bajja kukulemberamu enteekateeka z'enkulaakulana mu bitundu." }, { "english": "You will work hard on roads and farms when rebuilding this nation.", "luganda": "Mujja kussa nnyo amaanyi ku nguudo ne ku by'obulimi nga muzimba eggwanda lino." }, { "english": "There is a big task ahead of us to be completed.", "luganda": "Waliwo omulimu munene nnyo ogutulindiridde." }, { "english": "He called on the party members to support him.", "luganda": "Yagamba ab'ekibiina kye okumuwagira." }, { "english": "Some irresponsible members have worked to tear apart this party.", "luganda": "Abamu ku b'ekibiina kino abatali baabuvunaanyizibwa basatulula busatuluzi kibiina." }, { "english": "The young woman was kicked out of the marital home.", "luganda": "Omukazi yagobebwa mu maka ge." }, { "english": "We heard patrol soldiers approaching our house.", "luganda": "Twawulira abasirikale abalawuna nga basemberera ennyumba yaffe." }, { "english": "The soldiers asked if there were people in the house.", "luganda": "Abasirikale baabuuza obanga mu nnyumba mulimu abantu." }, { "english": "The car suddenly stopped when a cow was crossing the road.", "luganda": "Emmotoka yayimirira mbagirawo ente bwe yali esala ekkubo." }, { "english": "I was walking to the new building where I lived.", "luganda": "Nnali ntambula ngenda ku kizimbe ekipya gye nnali nsula." }, { "english": "She was rescued by another group of soldiers and taken to hospital.", "luganda": "Ekibinja ky'abasirikale abalala kyamununula era ne bamutwala mu ddwaliro." }, { "english": "The area was on high-security alert because of the recent crime in the area at the time.", "luganda": "Eby'okwerinda byali binywezeddwa nnyo mu kitundu olw'obumenyi bw'amateeka obwali bwakabaawo mu kitundu ekyo." }, { "english": "Her attackers were never arrested to answer for their crimes.", "luganda": "Abaamuwamba tebaakwatibwa kuvunaanibwa misango gye bazza." }, { "english": "She has never gotten justice.", "luganda": "Tafunanga bwenkanya." }, { "english": "There was still a heavy presence of soldiers in the town.", "luganda": "Waali wakyaliwo abasirikale bangi mu kabuga." }, { "english": "I could not just sit back even though I knew the area was insecure.", "luganda": "Nnali sisobola kutuula butuuzi wadde nga nnali nkimanyi nti ekitundu kyali kibi." }, { "english": "The soldiers left the town yesterday.", "luganda": "Eggulo abasirikale baavudde mu kabuga." }, { "english": "She was rescued by the patrol police late in the night.", "luganda": "Poliisi erawuna yamununula ekiro mu matumbi budde." }, { "english": "The minister always has a story of hope to tell the people.", "luganda": "Bulijjo minisita abeera n'emboozi ezzaamu essuubi ey'okubuulira abantu." }, { "english": "Uganda's overall disease prevalence rate has been reduced.", "luganda": "Sipiidi endwadde mu Uganda kwe zeeyongerera ekeendedde nnyo." }, { "english": "The success in disease prevention is due to the hard work of the doctors.", "luganda": "Obuwanguzi mu kutangira endwadde buvudde ku basawo abakola ennyo." }, { "english": "In northern Uganda the increasing violence against women has been reported to the police.", "luganda": "Poliisi etegeezeddwa nti ebikolwa eby'obukambwe ebikolebwa ku bakazi byeyongedde nnyo mu bukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "Some districts in the north still have disease infection rates.", "luganda": "Disitulikiti ezimu mu bukiikakkono sipiidi endwadde kwe zisaasaanira ekyali waggulu." }, { "english": "Nine percent of women in Northern Uganda are farmers.", "luganda": "Abakazi mwenda ku buli kikumi mu Bukiikakkono bwa Uganda balimi." }, { "english": "Girls as young as three years old and women of all ages always work very hard on the farms.", "luganda": "Abawala abato okuviira ddala ku b'emyaka esatu n'abakazi ab'emyaka egy'enjawulo bulijjo bakola nnyo mu malimiro." }, { "english": "Her story has never been told to the public.", "luganda": "Ebyamutuukako tebibuulirwanga bantu." }, { "english": "The loss of her two children to the war brought about her mental damage.", "luganda": "Okufiirwa abaana be babiri mu lutalo kyamuviirako okukosebwa obwongo." }, { "english": "She tested positive for COVID nineteen.", "luganda": "Yazuulibwamu kkovidi kkumi na mwenda." }, { "english": "My husband knew about the crime but he never said anything about it.", "luganda": "Omwami wange yali amanyi ebikwata ku kikolwa ekyo eky'obumenyi bw'amateeka naye talina kye yayogera." }, { "english": "We walked for thirty miles to get the medicine.", "luganda": "Twatambula mayiro 30 okufuna eddagala." }, { "english": "I have a young girl at home but she should be in school.", "luganda": "Nnina omwana omuto awaka naye alina kuba ku ssomero." }, { "english": "They can not raise four hundred thousand shillings for an operation.", "luganda": "Tebasobola kufuna mitwalo anna egyetaagisa omuntu okulongoosebwa." }, { "english": "Women who are victims of war crimes hardly get attention from policymakers.", "luganda": "Abakazi abaakolebwako ebikolwa eby'obumenyi bw'amateeka mu lutalo tebatera kulowoozebwako bateesi ba mateeka." }, { "english": "Many voters know that there will be real change after the election.", "luganda": "Abalonzi bangi bakimanyi nti wagenda kubaawo enkyukakyuka eya ddala oluvannyuma lw'okulonda." }, { "english": "The presidential term limits should be restored.", "luganda": "Ekkomo ku bisanja bya pulezidenti lisaanidde okuzzibwawo." }, { "english": "There is high voter alertness yet the performance of the public sector is extremely poor.", "luganda": "Abalonzi bangi bamanyi eky'okukola naye ebitongole ebiweereza abantu bikola bubi nnyo." }, { "english": "The authors studied the incidence of corruption in local governments.", "luganda": "Abawandiisi beekenneenya ebikolwa eby'obulyi bw'enguzi mu gavumenti z'ebitundu." }, { "english": "The mayors generally extracted fewer rental fees in the city.", "luganda": "Mu bibuga bameeya batera okufuna obusente butono ku mayumba." }, { "english": "The mayors have supported the street vendors in the city.", "luganda": "Meeya awagidde abatembeeyi abatundira ku nguudo mu kibuga." }, { "english": "After getting the operation her husband accepted her back.", "luganda": "Yamala kulongoosebwa olwo omwami we n'addamu okumukkiriza okudda awaka." }, { "english": "He realized I was not going to die.", "luganda": "Yakiraba nti nnali sigenda kufa." }, { "english": "He took me back in the house although we continued to sleep in separate rooms.", "luganda": "Yanzikiriza okuddamu okusula mu nnyumba naye era twasigala tusula mu bisenge bya njawulo." }, { "english": "The economic powerlessness of the victims makes the situation very hard.", "luganda": "Olw'okuba abakosebwa tebalina ssente kikalubya nnyo embeera." }, { "english": "She also provides some services to victims of sexual violence.", "luganda": "Era alina by'akolawo okuyamba abo abaakabasanyizibwa." }, { "english": "Make sure you take the child for immunization.", "luganda": "Kakasa nti otwala omwana okugemebwa." }, { "english": "Why should he limit his time in office if he can afford to stay longer?", "luganda": "Lwaki assa ekkomo ku kiseera ky'amala ng'afuga bwe kiba nti akyasobola okweyongerayo?" }, { "english": "Democracy is always an interesting topic to discuss.", "luganda": "Bulijjo ensonga ya dimokulasiya ekwata abantu omubabiro." }, { "english": "The medicine was provided by one of our sisters.", "luganda": "Eddagala lyatuweebwa omu ku baganda baffe omuwala." }, { "english": "There is an increase in the number of people currently using social networking sites especially Facebook.", "luganda": "Abantu abakozesa emikutu emigattabantu naddala ogwa Facebook beeyongedde nnyo." }, { "english": "We need to talk more often about maternal health.", "luganda": "Tusaanidde okwogeranga ennyo ku by'obulamu bw'abakazi abali embuto." }, { "english": "Her husband had a similar test yesterday.", "luganda": "Omwami we yakebereddwa ekintu kye kimu jjo." }, { "english": "She says her in-laws did not take care of her.", "luganda": "Agamba nti ab'enganda za bba tebaamulabirira." }, { "english": "The disclosure of her health condition cost her the marriage.", "luganda": "Okumanyisa ebikwata ku mbeera y'obulamu bwe kyayonoona obufumbo bwe." }, { "english": "The husband chased her from the house four years ago.", "luganda": "Omwami we yamugoba mu nnyumba emyaka ena emabega." }, { "english": "She wrestled with the loss of her marriage.", "luganda": "Yalumwa nnyo mu mutima olw'okufiirwa obufumbo bwe." }, { "english": "Many accident victims suffer from broken legs", "luganda": "Abantu bangi abagwa ku bubenje bamenyeka amagulu" }, { "english": "Women have to always take good care of their health.", "luganda": "Abakazi basaanidde okufangayo ku mbeera y'obulamu bwabwe." }, { "english": "I work with local council leaders and police to follow up on the criminals.", "luganda": "Nkolera wamu ne bassentebe awamu ne poliisi okulondoola abazzi b'emisango." }, { "english": "It is good to have peaceful elections.", "luganda": "Kirungi okuba n'okulonda okw'emirembe." }, { "english": "In this country people rarely talk about politics.", "luganda": "Mu nsi eno abantu tebatera kwogera ku bya bufuzi." }, { "english": "On voting day people turned up in large numbers.", "luganda": "Ku lunaku lw'okulonda abantu bajja mu bungi." }, { "english": "The election campaign and voting proved to be largely calm.", "luganda": "Okutwalira awamu kampeyini n'okulonda byali bya mirembe." }, { "english": "There was a great sense of relief that this election was concluded.", "luganda": "Waaliwo obuweerero bwa maanyi oluvannyuma lw'okulonda okwo okuggwa." }, { "english": "The impressive level of organization was seen throughout the election.", "luganda": "Mu kiseera kyonna eky'okulonda kyeyoleka bulungi nti okulonda okwo kwali kutegekeddwa bulungi." }, { "english": "The elections were well organized.", "luganda": "Okulonda okwo kwategekebwa bulungi nnyo." }, { "english": "Technology was used everywhere in that school.", "luganda": "Mu ssomero eryo tekinologiya yakozesebwanga buli wamu." }, { "english": "The victory party was written well before polling centers opened.", "luganda": "Ekibiina ekinaawangula kyawandiikibwa ng'ebula ekiseera ebifo ebironderwamu biggulwewo." }, { "english": "The Voters’ Register has a total of fifteen million voters.", "luganda": "Olukalala lw'abalonzi luliko abalinzo obukadde kkumi na butaano." }, { "english": "The appointed dates for elections include weekends.", "luganda": "Ennaku z'okulonda ezaasalibwawo zirimu n'ennaku za wiikendi." }, { "english": "The purpose of the display exercise is to enable voters to confirm their names in the register.", "luganda": "Ekigendererwa ky'okutimba enkalala kwe kusobozes abalonzi okukebera amannya gaabwe ku nkalala ezo." }, { "english": "The names should be spelled correctly in the registrar.", "luganda": "Amannya galina okuba nga gawandiikiddwa bulungi mu nkalala." }, { "english": "We should confirm that our photographs were taken correctly.", "luganda": "Tulina okukakasa nti ebifaananyi byaffe byakubibwa bulungi." }, { "english": "These people should report to the headmaster for a meeting.", "luganda": "Abantu bano balina okugenda eri omukulu w'essomero bafune olukungaana naye." }, { "english": "All the cattle have been sold from the farm.", "luganda": "Ente zonna ezaali ku faamu baazitunda." }, { "english": "These students are non-citizens.", "luganda": "Abayizi bano si batuuze ba ggwanga." }, { "english": "The students are under eighteen years of age.", "luganda": "Abayizi abo bali wansi wa myaka kkumi na munaana." }, { "english": "The priest belongs to another parish.", "luganda": "Omusosolodooti oyo wa mu kigo kirala." }, { "english": "The lawyers appeared many times in the village.", "luganda": "Bannamateeka bajja ku kyalo emirundi mingi." }, { "english": "The voter registers should be displayed at the parishes.", "luganda": "Enkalala z'abalonzi zirina okutimbibwa ku parisi." }, { "english": "The purpose of the exercise is to enable people wrongly recommended for deletion to object.", "luganda": "Ekyo kijja kuyamba abantu abaggibwako mu bukyamu okwerwanako." }, { "english": "Any person who was wrongly recommended for deletion has to report to the parish leader.", "luganda": "Omuntu yenna eyaggibwako mu bukyamu asaanidde okutegeeza omukulu w'ekyalo." }, { "english": "The parish leader shall make the final decision concerning any such recommendation for deletion.", "luganda": "Omukulu w'ekyalo asaanidde okusalawo eky'enkomeredde ku abo abaggibwa ku nkalala." }, { "english": "The general public should also note that the display process should be transparent.", "luganda": "Ate era abantu basaanidde okukiraba nti okutimba enkalala kukoleddwa mu bwerufu." }, { "english": "Fresh application for registration as a voter shall not be accepted during this display exercise.", "luganda": "Abantu abapya abaagala okwewandiisa balonde tebajja kukkirizibwa kwewandiisa mu kiseera ky'okutimba enkalala." }, { "english": "This is a very important exercise that could determine whether you vote on polling day or not.", "luganda": "Okutimba enkalala n'okuzikebera kukulu kubanga ze zijja okusinziirwako okukkiriza omuntu okulonda oba obutalonda." }, { "english": "One hundred duplicates will be sent to respective polling stations for confirmation.", "luganda": "Enkalala 100 ezookeseddwamu zijja kuweerezebwa mu bifo awalonderwa okwongera okukakasibwa." }, { "english": "Four political parties are encouraged to participate in this voting exercise.", "luganda": "Ebibiina by'obufuzi bina bye bisuubirwa okwenyigira mu kulonda kuno." }, { "english": "He acknowledged that opposition parties can generate debate in an election.", "luganda": "Yagamba nti ebibiina by'obufuzi bisobola okuleetawo ensonga ey'okwogerako mu kiseera ky'okulonda." }, { "english": "The opposition must suggest alternative policies to the government.", "luganda": "Ab'oludda oluvuganya basobola okuwa gavumenti ebirowoozo ku bintu bye balowooza nti byetaaga okukyusibwamu." }, { "english": "We should not base political competition on the personal issues of individual actors.", "luganda": "Tetusaanidde kupimira kuvuganya mu bya bufuzi nga tusinziira ku nsonza z'omuntu omu." }, { "english": "We should base political competition on new programs and ideas.", "luganda": "Tusaanidde okuvuganya mu by'obufuzi nga tusinziira ku nteekeeka empya n'ebirowoozo ebipya." }, { "english": "The president and his party rejected the opposition's suggestion.", "luganda": "Pulezidenti n'ekibiina kye baagaana okuwuliriza ebirowoozo by'oludda oluvuganya." }, { "english": "There is a need for electoral reforms to stop vote rigging and ensure free and fair elections.", "luganda": "Waliwo obwetaavu bw'okukola enkyukakyuka mu nzirukanya y'eby'obufuzi okukakasa nti okulonda kuba kwa mazima na bwenkanya." }, { "english": "Probably the commission is good at handling the complaints.", "luganda": "Kirabika akakiiko kakwata bulungi okwemulugunya kw'abantu." }, { "english": "The contention has mainly been on the way the electoral commission members are appointed.", "luganda": "Okwemulugunya kusinga kuba ku ngeri ababa ku kakiiko k'eby'okulonda gye balondebwamu." }, { "english": "Two of the four elections were conducted under a multi-party system of governance.", "luganda": "Mu kulonda okw'emirundi ena okubaddewo okulonda kwa mirundi ebiri kwe kwenyigiddwamu ebibiina by'obufuzi ebitali bimu." }, { "english": "The opposition parties have been calling for a change in the procedure of appointing their leaders", "luganda": "Ebibiina by'oludda oluvuganya bibadde bisaba wabeewo enkyukakyuka mu ngeri abakulembeze baabyo gye balondebwamu" }, { "english": "Their proposed reforms will provide a level playground for all actors.", "luganda": "Enkyukakyuka ze baagala zikolebwe zijja kusobozesa bonna abeenyigiramu okuweebwa omukisa ogwenkana." }, { "english": "Appointed members of the commission are selected by the parliamentary committee.", "luganda": "Paliyamenti y'eronda ababa ku kakiiko." }, { "english": "The presidents of the Political Parties discussed the matter.", "luganda": "Bapulezidenti b'ebibiina by'obufuzi baakubaganya ebirowoozo ku nsonga eyo." }, { "english": "It is not the president who gives them employment.", "luganda": "Pulezidenti si y'abawa emirimu." }, { "english": "The president cannot remove them from office.", "luganda": "Pulezidenti tasobola kubagoba ku mirimu gyabwe." }, { "english": "No political party will claim to be left out during elections.", "luganda": "Tewali kibiina kya bya bufuzi kijja kugamba nti kirekeddwa ebbali mu kiseera ky'okulonda." }, { "english": "The parties complained that the government has an unfair advantage over other people.", "luganda": "Ebibiina byemulugunya nti gavumenti ya nkizo nnyo okusinga ku bantu abalala." }, { "english": "The judges upheld the election results saying the outcome had not been affected.", "luganda": "Abalamuzi tebaasazaamu byali bivudde mu kulonda nga bagamba nti tebyakosebwa nnyo." }, { "english": "The elections were not free and fair.", "luganda": "Okulonda tekwali kwa mazima na bwenkanya." }, { "english": "The price of beer is cheaper than any local raw material here.", "luganda": "Ssente ezigula bbiya za wansi okusinga ezigula ebintu eby'okukozesa ebigulwa wano." }, { "english": "Beer is often consumed more in the evening.", "luganda": "Abantu abasinga bbiya bamunywa kawungeezi." }, { "english": "What is the business logic of importing beer?", "luganda": "Ddala bannabyabusuubuzi bafuniramu wa mu bbiya ayingira mu ggwanga?" }, { "english": "Roads should be constructed with genuine materials.", "luganda": "Enguudo zisaanidde okuzimbibwa n'ebizimbisibwa ebituufu." }, { "english": "The company is looking for local content to buy quality products.", "luganda": "Kampuni enoonya w'eyinza okugula ebintu eby'omutindo omulungi mu ggwanga." }, { "english": "We can only develop locally if we start by do not buy imported raw materials.", "luganda": "Tusobola okuleetawo enkulaakulana mu ggwanga singa tulekera awo okugula eby'okukozesa okuva ebweru." }, { "english": "This will grow the industry and benefit a lot of people.", "luganda": "Ekyo kijja kuyamba amakolero okukula era kijja kuganyula abantu bangi." }, { "english": "The main challenge we are facing is in distributing our products to all corners of the country to serve our loyal customers.", "luganda": "Okusoomooza kwe tusinga okuba nakwo kwe kw'okutuusa ebintu byaffe ku bakasitoma baffe mu bitundu by'eggwanga byonna." }, { "english": "The cost of fuel is high and yet the roads are very poor.", "luganda": "Ebbeeyi y'amafuta eri waggulu ate ng'amakubo mabi." }, { "english": "How are you resolving these challenges in the oil and gas sector?", "luganda": "Mwanganze mutya okusoomooza okwo mu by'amafuta ne gaasi?" }, { "english": "These challenges are affecting the general business community.", "luganda": "Okutwalira awamu bizineesi zonna zoolekagana n'okusoomooza okwo." }, { "english": "Like the private sector we are doing everything to improve the connection of Kampala to the port of Mombasa.", "luganda": "Ffe aba bizineesi ez'obwa nnannyini tukola kyonna ekisoboka okulongoosa entambula wakati wa Kampala n'omwalo gw'e Mombasa." }, { "english": "We are aware of the work going on in Kiboga.", "luganda": "Tumanyi omulimu ogugenda mu maaso e Kiboga." }, { "english": "The process is too slow and we are not sure if this will address our transportation issues adequately.", "luganda": "Ebintu bitambula kasoobo era tetukakasa obanga ekyo kinaagonjoola bulungi ekizibu ky'eby'entambula kye tulina." }, { "english": "More needs to be done to improve the general road infrastructure.", "luganda": "Waliwo bingi ebikyetaaga okukolebwa okutereeza enguudo." }, { "english": "We are working on systems that improve efficiency in the transport sector.", "luganda": "Tulina ebintu ebitali bimu bye tukolako okusobola okulongoosa mu by'entambula." }, { "english": "We are also educating our staff on the need to save energy.", "luganda": "Era tuyigiriza n'abakozi baffe ku ngeri gye bayinza okukkekkerezaamu amasannyalaze n'ebirala ebiringa ebyo." }, { "english": "How are you dealing with the growing competition in the beer industry?", "luganda": "Mwanganga mutya okuvuganya okweyongera mu bizineesi ya bbiya?" }, { "english": "The competition is not only on beers but the entire beverage sector.", "luganda": "Okuvuganya tekuli mu kampuni za bbiya zokka naye kuli ne mu kampuni endala zonna ezikola eby'okunywa." }, { "english": "We are committed to creating a new experience in the textile market.", "luganda": "Tuli bamalirivu okuleeta ebipya mu katale k'engonye." }, { "english": "I think it is now very common to hear adverts about possible tour opportunities.", "luganda": "Ndowooza nti kati kya bulijjo okuwulira obulango obuyita abantu okulambula." }, { "english": "The true quality offered to the consumer is actual.", "luganda": "Omutindo gw'ebintu ebiweebwa abantu gwa ddala." }, { "english": "You have also seen the response in the market with regards to sugar-free beer.", "luganda": "Ate era olabye engeri okukola bbiya ataliimu sukaali gye kikutte ku katale." }, { "english": "Some brands are now being imported into the Ugandan market.", "luganda": "Ebika bya bbiya ebimu ebitundibwa mu Uganda biggibwa bweru." }, { "english": "Sugar-free beer has been able to create a positive perception with the consumers.", "luganda": "Abantu bangi baagadde nnyo bbiya ataliimu sukaali." }, { "english": "I am very happy that our brands have exited the market.", "luganda": "Ndi musanyufu nti abantu baagadde nnyo bbiya gwe tukola." }, { "english": "We promise not to disappoint our quality-loving consumers.", "luganda": "Tusuubiza obutayiwaayo bakasitoma baffe abaagala ebintu eby'omutindo omulungi." }, { "english": "The quality of our products remains our guiding principle.", "luganda": "Kye tukulembeza kwe kukola ebintu eby'omuntindo omulungi." }, { "english": "East African Breweries Limited recently acquired a company in Tanzania.", "luganda": "Ggye buvuddeko awo ekitongole kya East African Breweries Limited kyagula kampuni emu mu Tanzania." }, { "english": "This puts a lot of expectations on the Ugandan market.", "luganda": "Ekyo kireetera abantu okusuubira bingi okuva mu katale ka Uganda." }, { "english": "The advertisements are bearing positive returns for the company.", "luganda": "Obulango buyambye mu kwongera ku magoba kampuni g'ekola." }, { "english": "It is a good opportunity for those with established businesses to tap on.", "luganda": "Kano kakisa kalungi abo abalina bizineesi ezeetengeredde obulungi ke bayinza okukozesa." }, { "english": "We are at the moment when a small player has dominated the market.", "luganda": "Tuli mu kaseera nga bizineesi entono yeefuze akatale." }, { "english": "We are watching the match between the greatest boxers.", "luganda": "Tulinga abalaba omuzannyo gw'ebikonde wakati w'abazannyi babiri abasingayo obulungi." }, { "english": "The current protocol on the free movement of vehicles will change next month.", "luganda": "Enkola kati eriwo ekkiriza emmotoka okutambula kyere ejja kukyuka omwezi ogujja." }, { "english": "The earlier protocol on traffic structure had a more impact on Boda Boda riders.", "luganda": "Enkola eyasooka okugobererwa mu by'entambula yakosa nnyo abavuzi ba bodabooda." }, { "english": "Certain goods should immediately be sold off.", "luganda": "Waliwo eby'amaguzi ebirina okutundibwa amangu ddala." }, { "english": "The larger market leads to a more vibrant economy of over one hundred million people.", "luganda": "Akatale bwe kagaziwa kisitula eby'enfuna by'abantu abasukka mu bukadde kikumi." }, { "english": "The harmonization of the customs tariffs in the region will finally be achieved.", "luganda": "Tujja kusobola okuba n'omusolo gwe gumu ku by'amaguzi." }, { "english": "I think the impact in the long run will be tax reduction.", "luganda": "Ndowooza nti ekiseera bwe kinaagenda kiyitawo omusolo ku bintu gujja kukendeera." }, { "english": "What innovations came out of Nile Breweries last year?", "luganda": "Bintu ki ebyayiiyizibwa ekitongole kya Nile Breweries omwaka oguwedde?" }, { "english": "We have introduced new brands which are made using local raw materials.", "luganda": "Twatandika okukola ebika by'omwenge ebipya ebikolebwa mu bintu bya wano." }, { "english": "This is targeting our consumers in the bracket that cannot afford the expensive products.", "luganda": "Kino tukikola nga tulowooza ku bakasitoma abatasobola bintu bya bbeeyi." }, { "english": "The new product has been designed carefully.", "luganda": "Omwenge omupya gwakolebwa n'obwegendereza." }, { "english": "We have offered the product at a modest price to benefit the target market.", "luganda": "Tugutunda ku bbeeyi ensamusaamu okuganyula abantu be tugukoledde." }, { "english": "What is your management style?", "luganda": "Oddukanya otya bizineesi yo?" }, { "english": "At this year’s event different companies will compete for eleven awards.", "luganda": "Mu mwoleso gw'omwaka guno kampuni ezitali zimu zijja kuvuganya ku birabo kkumi na kimu." }, { "english": "The bank objected to the assessment under the Income-tax Act.", "luganda": "Bbanka yagaana ebyasalibwawo okusinziira ku tteeka erikwata ku musolo ogugerekebwa ku nnyingiza." }, { "english": "Interest on agriculture loans is always tax-exempt.", "luganda": "Amagoba ku ssente eziwolebwa abalimi tegatera kuggibwako musolo." }, { "english": "The bank challenged the tax body’s assessment of agricultural loans.", "luganda": "Bbanka yawakanya ebyasalibwawo ekitongole ky'eby'emisolo ku ssente eziwolebwa abalimi." }, { "english": "The court ruled that interest on loans to persons who export coffee is not exempted from Income Tax.", "luganda": "Kkooti yasalawo nti amagoba ku ssente eziwolebwa abantu abasuubuza emmwanyi wabweru w'eggwanga zirina okuggibwako omusolo." }, { "english": "A tax exemption is only granted to persons engaged in growing crops.", "luganda": "Abo bokka abalima ebirime be batalina kuggibwako musolo ." }, { "english": "Domestic sales went up six by percent last year.", "luganda": "Omuwendo gw'ebintu ebitundibwa munda mu ggwanga gwalinnya ebitundu mukaaga ku buli kikumi omwaka oguwedde." }, { "english": "The company said an improved operating environment will boost their sales.", "luganda": "Kampuni yagamba nti singa embeera mwe bakolera erongooka kijja kwongera ku muwendo gw'ebintu bye batunda." }, { "english": "The cigarette maker said it would start exporting tobacco soon.", "luganda": "Abakozi ba ssigala baagamba nti bajja kutandika okutunda ttaaba wabweru w'eggwanga." }, { "english": "Smoking is usually harmful to the lungs.", "luganda": "Okufuuweeta ssigala kikosa amawuggwe." }, { "english": "The first annual communications awards were launched last week.", "luganda": "Awaadi eziweebwa kampuni ezisinze okukola obulungi mu mwaka zaatongozebwa wiiki ewedde." }, { "english": "The awards are categorized into three to cover the diversity in the sector.", "luganda": "Awaadi ezo zigwa mu biti bisatu okusobola okukwata ku nsonda ezitali zimu." }, { "english": "Award participants included service providers and academia.", "luganda": "Mu beenyigira mu awaadi zino muzingiramu abatuusa ku bantu empeereza n'abanoonyereza." }, { "english": "The winning firm will benefit from getting the quality award.", "luganda": "Kampuni empanguzi eweebwa ekirabo mu kukola ebintu eby'omutindo omulungi." }, { "english": "The consortium comprises sixteen telecom operators.", "luganda": "Mu kampuni ezo mulimu kampuni kkumi na mukaaga ez'eby'empuliziganya." }, { "english": "The investment was two hundred million United States dollars.", "luganda": "Ddoola z'Amerika obukadde bibiri ze zaateekebwamu." }, { "english": "The Super League received fifty-three million shillings.", "luganda": "Empaka za Super League zaaweebwa obukadde 53." }, { "english": "Over the same period the league needed at least two billion shillings to run.", "luganda": "Mu kiseera ekyo kye kimu empaka ezo zaali zeetaaga obuwumbi obutakka wansi wa bubiri okusobola okuddukanyizibwa." }, { "english": "The eighteen league teams needed on average one hundred million shillings apiece.", "luganda": "Ttiimu ekkumi n'omunaana ezeetaba mu mpaka ezo buli emu yali yeetaaga obukadde nga kikumi." }, { "english": "A Super League game always has twelve players.", "luganda": "Buli luzannya mu mupaka za Superleague lubaamu abazannyi kkumi na babiri." }, { "english": "Individual soccer lovers contribute the biggest chunk of the needed funds.", "luganda": "Abantu kinnoomu abanyumirwa omupiira be basinga okuwaayo ssente ezeetaagibwa ezisinga obungi." }, { "english": "The availability of funds depends on the financial status of their charitable organization.", "luganda": "Ssente ezifunibwa zisinziira ku mbeera y'eby'enfuna ey'ebitongole ebivugirizi." }, { "english": "This uncertain situation has not gone unnoticed by football administrators.", "luganda": "Embeera eyo abaddukanya omupiira bagimanyi." }, { "english": "He says long gone are the days of amateur football.", "luganda": "Agamba nti ekiseera abantu we baazannyiranga omupiira ne batasasulwa kyayitawo dda." }, { "english": "He has foreseen a situation where football clubs have become investment opportunities.", "luganda": "Agamba nti alaba nti gye bujja kiraabu z'omupiira zigenda kufuukira ddala bizineesi abantu gye bassaamu ssente." }, { "english": "Super League has become a professional football team.", "luganda": "Empaka za Super League zifuuse za baporofesono." }, { "english": "This company will obtain all the necessary equipment needed for the match.", "luganda": "Kampuni eno ejja kufuna ebintu byonna ebyetaagibwa omupiira okubaawo." }, { "english": "The other sixteen ordinary shareholders will be part of the main club.", "luganda": "Abantu abalala aba bulijjo 16 abalina emigabo bajja kuba ba mu kiraabu ennene." }, { "english": "Those that get low points will automatically be disqualified.", "luganda": "Abo abafuna obubonero obutono bajja kuwandukamu." }, { "english": "The number of teams in the Super League has been cut by half beginning next season.", "luganda": "Omuwendo gwa ttiimu ezeenyigira mu mpaka za Super League gujja kukendeezebwa ebitundu ataano ku buli kikumi sizoni eddako." }, { "english": "The number of teams in the Super League will be evaluated in the next season.", "luganda": "Omuwendo gwa ttiimu ezeetaba mu mpaka za Super League gujja kuddamu gwetegerezebwe sizoni eddako." }, { "english": "The club licensing process shall consider several important factors.", "luganda": "Waliwo ebintu ebitali bimu ebijja okutunuulirwa nga kiraabu tennaweebwa layisinsi." }, { "english": "The aim is to give rise to football clubs that are professionally run.", "luganda": "Ekigendererwa kya kussaawo kiraabu z'omupiira eziddukanyizibwa mu ngeri ey'ekikugu." }, { "english": "The most obvious avenues he cites for increasing financing are through sponsorship.", "luganda": "Agamba nti engeri ennyangu ey'okwongera ku ssente kwe kufuna abavujirizi oba basiponsa." }, { "english": "Building partnerships with corporate bodies is important.", "luganda": "Kikulu okukolagana ne kampuni ennene." }, { "english": "Face-to-face meetings between students and supervisors have enabled progress in the study.", "luganda": "Abayizi okwogera maaso ku maaso ne basupavayiza kiyambye mu kuleetawo enkulaakulana mu by'enjigiriza." }, { "english": "He believes an end will be achieved through reorganizing the organizational heads.", "luganda": "Agamba nti wajja kubaawo ekituukibwako singa abo abakulembera ebibiina baddamu okutegekebwa." }, { "english": "Sponsorship is one of the biggest sources of financing football clubs around the world.", "luganda": "Ekimu ku bintu kiraabu z'omupiira mu nsi yonna mwe zisinga okufuna ssente be bavujjirizi ." }, { "english": "The Uganda Super League has reaped from this source only recently.", "luganda": "Omukutu guno ogw'okufuna ssente empaka za Uganda Super League zaakatandika okugukozesa." }, { "english": "The league season is worth four million United States dollars.", "luganda": "Okusobola okumalako sizoni ya liigi kyetaagisa doola z'Amerika obukadde buna." }, { "english": "The deal was accomplished by the world's financial players.", "luganda": "Endgaano eyo yatuukirizibwa ebibiina by'ensimbi eby'ensi yonna." }, { "english": "The new arrangement aims to attract many more competitive grants.", "luganda": "Enteekateeka empya egendereddwa okusikiriza abavujjirizi bangi." }, { "english": "Up to twelve people were seriously injured in the accident", "luganda": "Abantu 12 be baafunye ebisago mu kabenje" }, { "english": "In all cases the government has not reacted firmly.", "luganda": "Mu mbeera ezo zonna gavumenti terina kya maanyi ky'ekozeewo." }, { "english": "In some cases it has offered the wrong intervention to the problem.", "luganda": "Ebiseera ebimu engeri gy'egezezzaako okugonjoola ebizibu tebadde ntuufu." }, { "english": "The delegates decided not to elect a new regional leader.", "luganda": "Ababaka baasalawo obutalonda mukulembeze wa kitundu mupya." }, { "english": "The culprits included his wife and his sister.", "luganda": "Mu bazzi b'emisango mwalimu mukyala we ne mwannyina." }, { "english": "Why are the children fighting every day?", "luganda": "Lwaki abaana balwana buli lunaku?" }, { "english": "The idea appears to be driven by the need to create a new constituency.", "luganda": "Kirabika ekirowoozo ekyo kizze lwa kuba waliwo obwetaavu obw'okuteekawo konsitutiwensi empya." }, { "english": "He sustained a deep cut on the head during the fight.", "luganda": "Yafunye ekisago eky'amaanyi ku mutwe bwe baabadde balwana." }, { "english": "Violence and election rigging were exhibited during the previous elections.", "luganda": "Okulonda okwaggwa kwalimu ebikolwa eby'obukambwe bingi n'ekibba bululu kingi." }, { "english": "Why were senior party leaders fighting and threatening each other?", "luganda": "Lwaki abakulu mu kibiina baali balwanagana era nga buli omu atiisatiisa munne?" }, { "english": "They know that they go through the party primary elections.", "luganda": "Bakimanyi nti balina okuyita mu kulonda kw'ekibiina okw'okusunsulamu." }, { "english": "It is survival for the fittest right now.", "luganda": "Kati ow'amaanyi y'asinga." }, { "english": "The solution for the violence lies elsewhere other than the political party structures.", "luganda": "Okusobola okumalawo ebikolwa eby'obukambwe tulina kutunula walala so si mu bibiina bya bufuzi." }, { "english": "The players are irresponsible and greedy.", "luganda": "Abavuganya si babuvunaanyizibwa era ba mululu." }, { "english": "He said part of the reason for the delay is due to inadequate funding.", "luganda": "Yagamba nti ekimu ku bireeseewo okukandaalirira ze ssente entono." }, { "english": "The government has rejected all the proposed electoral reforms.", "luganda": "Gavumenti egaanye okukolera ku birowoozo byonna ebigiweereddwa ku nkyukakyuka ez'okukola mu by'okulonda." }, { "english": "The records show that the party has sunk into bribery.", "luganda": "Ebiwandiiko biraga nti ekibiina kijjudde obulyi bw'enguzi." }, { "english": "A pattern is emerging about areas likely to see election violence.", "luganda": "Kati waliwo ebitundu ebiba bisuubirwa okubaamu obuvuyo mu biseera by'okulonda." }, { "english": "The areas with powerful ruling party officials will win the election", "luganda": "Ebitundu ebirimu abakungu b'ekibiina ab'amaanyi abafuga biwangula akalulu" }, { "english": "In other areas the National Resistance Movement functionaries are too powerful to lose.", "luganda": "Mu bitundu ebirala abakungu ba NRM ababirimu ba maanyi nnyo era si kyangu kubawangula." }, { "english": "As a former Member of Parliament he was expected to give up on the reelection.", "luganda": "Olw'okuba yaliko omubaka wa paliyamenti yali asuubirwa okuwanika ku ky'okuddamu okulonda." }, { "english": "It is unclear how he will handle the COVID-19 situation at this time.", "luganda": "Tekinnamanyibwa ngeri gy'anaakwatamu embeera ya kkovidi kkumi na mwenda ku mulundi guno." }, { "english": "He killed one person and injured two during the accident.", "luganda": "Mu kabenje ako yatta omuntu omu era n'atuusa ebisago ku bantu babiri." }, { "english": "He is serving a jail sentence for robbery.", "luganda": "Ali mu kkomera lwa kubba." }, { "english": "He went to court but the police claimed the evidence was insufficient.", "luganda": "Yagenda mu kkooti naye poliisi yagamba nti tewaali bujulizi bumala." }, { "english": "The current ministers have run election campaigns characterized by serious violence.", "luganda": "Kampeyini za baminisita abaliwo kati zaalimu ebikolwa eby'obukambwe bingi." }, { "english": "The individuals involved were not brought to court.", "luganda": "Abaali bavunaanibwa tebaaleetebwa mu kkooti." }, { "english": "No action was taken against the culprits involved.", "luganda": "Tewali kyakolebwa abo abazza emisango egyo." }, { "english": "The country will be pushed into another era of political instability.", "luganda": "Eggwanga ligenda kuddamu okubangamu obutali butebenkevu mu kiseera ky'okulonda." }, { "english": "Several politicians have since been involved in the violence.", "luganda": "Okuva olwo wabaddewo bannabyabufuzi abawerako abeenyigidde mu bikolwa eby'obukambwe." }, { "english": "Several people were killed as a result of violence.", "luganda": "Obuvuyo obwaliwo bwaviirako abantu abawerako okuttibwa." }, { "english": "He warned about fighting between the two families.", "luganda": "Yalabula ku kulwanagana wakati w'ab'omu maka ago abiri." }, { "english": "He has warned that he is ready to fight whoever wants to fight.", "luganda": "Yagamba nti mwetegefu okulwanyisa oyo yenna ayagala okulwana." }, { "english": "The post-election violence was a sudden reaction to the election rigging.", "luganda": "Okulwanagana okwaliwo oluvannyuma lw'okulonda kwava ku kuba nti obululu bwabbibwa." }, { "english": "People were targeted based on their ethnicity.", "luganda": "Abantu baalumbiba okusinziira ku ggwanga lyabwe." }, { "english": "Politicians were the people that society most looked up to.", "luganda": "Abantu abasinga obungi baali bassa nnyo ekitiibwa mu bannabyabufuzi era nga babatunuulira ng'ekyokulabirako." }, { "english": "A few other tribes have also picked their leaders.", "luganda": "N'amawanga amalala agawerako nago galonze abakulembeze baago." }, { "english": "He was perceived by the public as a good candidate", "luganda": "Abantu bangi baali balaba nti ye yali omuntu omutuufu okwesimbawo" }, { "english": "He had been selected to be president to lead the football team.", "luganda": "Yali yalondebwa okuba pulezidenti akulembera ttiimu y'omupiira." }, { "english": "However he tried bravely some might say naively to exercise his executive powers.", "luganda": "Naye yayoleka obuvumu abalala kye bagamba nti tekyali kya magezi okwoleka obuyinza bwe." }, { "english": "This idea was welcomed by the residents.", "luganda": "Ekirowoozo ekyo abatuuze bangi baakisanyukira." }, { "english": "These politicians insisted that they would contest in the general elections.", "luganda": "Bannabyabufuzi abo baalemerako nti bajja kwesimbawo mu kulonda okwa bonna." }, { "english": "It is clear that this job will not be sustainable.", "luganda": "Kyeyoleka kaati nti omulimu ogwo tegujja kusoboka." }, { "english": "It is a closed chapter because we have no answers.", "luganda": "Ekyo tukitadde kubanga tetulina bya kuddamu." }, { "english": "If he committed to authoring a book it would have been a worthy read.", "luganda": "Singa yasalawo okuwandiika ekitabo kyandibadde kigwana okukisoma." }, { "english": "Even though he had a sharp brain he did not write any book.", "luganda": "Wadde nga yali mugezi nnyo teyawandiika kitabo kyonna." }, { "english": "He left the world with little beyond his many jokes and funny observations.", "luganda": "We yaviira mu nsi kyokka ekyali kimujjukirwako bye bintu ebingi ebisesa bye yayogeranga era n'ebirowoozo ebisanyusa bye yawanga." }, { "english": "The daughters of the deceased looked on.", "luganda": "Bawala b'omugenzi baatunula." }, { "english": "There is a need for those who knew him closely to share his thoughts and what he stood for.", "luganda": "Abo abaali bamumanyi era abaamuli ku lusegere beetaaga okutubuulira endowooza gye yalina ku bintu ebitali bimu ne ki kye yali ddala." }, { "english": "An army was deployed outside the market to handle the riots.", "luganda": "Amagye gaayiibwa wabweru w'akatale okulwanyisa abeekalakaasa." }, { "english": "He was presented with the challenge but did not resist it.", "luganda": "Yayolekagana n'okusoomooza naye teyakuziyiza." }, { "english": "He stood in at a time when the nation was about to tear apart into a failed state.", "luganda": "Yatwala obuyinza mu kiseera eggwanga bwe lyali linaatera okusasika." }, { "english": "The idea was welcomed by the board members.", "luganda": "Ekirowoozo ekyo kyasembebwa bonna abaali ku kakiiko." }, { "english": "He has accumulated a lot of wealth through his company.", "luganda": "Yeekungaanyirizza eby'obugagga bingi okuyitira mu kampuni ye." }, { "english": "The professor is very brilliant.", "luganda": "Profesa mugezi nnyo." }, { "english": "What does it mean to accumulate wealth?", "luganda": "Kitegeeza ki okwekungaanyiriza eby'obugagga." }, { "english": "The Nairobi site was selected as the headquarters of the Uganda railway.", "luganda": "Nairobi ye yalondebwa okuba ekitebe ekikulu eky'ekitongole ky'eggaali y'omukka eya Uganda." }, { "english": "The first hospital buildings were erected last year.", "luganda": "Ebizimbe by'eddwaliro ebyasooka byazimbibwa omwaka oguwedde." }, { "english": "There are many languages spoken in Uganda.", "luganda": "Waliwo ennimi nnyingi ezoogerwa mu Uganda." }, { "english": "Some languages are well documented.", "luganda": "Ezimu ziwandiikibwa n'okuwandiikibwa." }, { "english": "There will be having meetings with all the students.", "luganda": "Bajja kufuna enkungaana n'abayizi bonna." }, { "english": "Every student's proposal is different.", "luganda": "Buli muyizi alina ekirowoozo kya njawulo." }, { "english": "Things are done differently in every university.", "luganda": "Mu buli yunivasite ebintu bikolebwa mu ngeri ya njawulo." }, { "english": "We should develop generic guidelines for supervision.", "luganda": "Tusaanidde okussaawo obulagirizi basupavayiza bonna okutwalira awamu bwe balina okugoberera." }, { "english": "The supervisor has to approve the Ph.D. research.", "luganda": "Supavayiza alina okusemba okunoonyereza kw'omuntu asomerera diguli ya PhD." }, { "english": "What is a toe and how is it different from the engine?", "luganda": "Toe ye ki era eyawukana etya ku yingini?" }, { "english": "Toe measures the degree to which the vehicle’s wheels are pointed in or out.", "luganda": "Toe ze ddiguli emipiira gy'emmotoka kwe gyewetera nga gitunudde munda oba wabweru." }, { "english": "The car was repainted last year.", "luganda": "Emmotoka baagisiiga langi omwaka oguwedde." }, { "english": "There is a lot of disagreement within the party.", "luganda": "Waliwo obutakwatagana bungi mu kibiina." }, { "english": "One should ensure that they have the necessary skills sets when applying for the job.", "luganda": "Omuntu alina okukakasa nti alina obumanyirivu obwetaagisa nga tannasaba mulimu." }, { "english": "Data collection is always a very tedious activity.", "luganda": "Omulimu gw'okukungaaya ddata tegutera kuba mwangu." }, { "english": "Students should be able to carry out independent research.", "luganda": "Abayizi balina okuba nga basobola okukola okunoonyereza ku lwabwe." }, { "english": "Discussions should be done healthily.", "luganda": "Okukubaganya ebirowoozo kusaanidde okukolebwa mu ngeri ennungi." }, { "english": "Gaps should be filled when a player is not able to attend the match.", "luganda": "Omuzannyi bw'aba tasobodde kubaawo kuzannya walina okubaawo azannya mu kifo kye." }, { "english": "The candidate needs to prepare sufficiently for their exams.", "luganda": "Abayizi basaanidde okweteekerateekera obulungi ebigezo." }, { "english": "The company has been invited for the promotional avenues.", "luganda": "Kampuni eweereddwa akakisa okukola polomoosoni." }, { "english": "The defects in the car should not prevent you from driving.", "luganda": "Ebitateredde bulungi ku mmotoka tebisaanidde kukulemesa kuvuga." }, { "english": "Wheel alignment is key for tyre life and car stability on the road.", "luganda": "Emipiira bwe gitereera obulungi giwangaala era emmotoka etereera bulungi ku luguudo." }, { "english": "We should always take feedback in good faith.", "luganda": "Tetusaanidde kunyiiga nga waliwo atubuulidde eky'okutereezaamu." }, { "english": "Acknowledgment should always be given to the sponsor.", "luganda": "Omuvujjirizi oba siponsa asaanidde okusiimibwa." }, { "english": "Donors give warning remarks over corruption.", "luganda": "Abagabi b'obuyambi balabula ku bulyi bw'enguzi." }, { "english": "Many people will be hosted in a large groundbreaking activity.", "luganda": "Abantu bangi bajja kubaawo ku mukolo gw'okutema evvuunike." }, { "english": "There are huge drinking water tanks on all four corners.", "luganda": "Ku buli emu ku nsonda ennya kuliko ttanka ennene ey'amazzi g'okunywa." }, { "english": "The first aid tent should be enlarged.", "luganda": "Weema omuweebwa obujjanjabi obusookerwako esaanidde okugaziyizibwa." }, { "english": "Youth volunteers would keep combing the crowd looking for the young the elderly and the disabled to take them to more appropriate places.", "luganda": "Abavubuka abakola nga bannakyewa baanoonyanga mu bantu abavubuka bannamukadde n'abaliko obulemu okubatwala mu bifo gye basobola okuyambibwa." }, { "english": "I hope you keep entertaining our President.", "luganda": "Ka nsuubire oneeyongera okusanyusa pulezidenti." }, { "english": "The opposition helps the western donors who give them money.", "luganda": "Ab'oludda oluvuganya gavumenti bayamba abantu ab'ebweru ababawa ssente." }, { "english": "The opposition has to learn to take the little advantages offered by these donors.", "luganda": "Ab'oludda oluvuganya balina okuyiga okukozesa obulungi akakisa ako akatono abo ababawa ssente ke babawa." }, { "english": "Reach out to them despite all the roadblocks.", "luganda": "Mubayambe wadde nga waliwo emiziziko mingi." }, { "english": "Go to every parish screening every single candidate for the upcoming elections.", "luganda": "Mugende mu buli kitundu nga musunsulamu abo abaneesimbawo mu kulonda okujja." }, { "english": "What has befallen our Members of Parliament?", "luganda": "Kiki ekituuse ku babaka baffe aba paliyamenti?" }, { "english": "We have heard of some legislators breaking a government institution’s regulations.", "luganda": "Tuwulidde ku bamu ku abo abassaawo amateeka naye ate ne bamenya amateeka agassibwawo ekitongole kya gavumenti." }, { "english": "I just wonder what kind of image these legislators are showing to the youths.", "luganda": "Nneebuuza ekifaananyi abantu abo abassaawo amateeka ate ne bagamenya kye bawa abavubuka." }, { "english": "There will be no delay in funds disbursement.", "luganda": "Tebagenda kulwawo kubawa ssente." }, { "english": "Those found guilty of unfit behavior should be held accountable for their actions.", "luganda": "Abo abasingisibwa omusango basaanidde okusasulira ebikolwa byabwe ebibi." }, { "english": "I think it is time we all said enough of the violence and dishonorable behavior of members of parliament.", "luganda": "Ndowooza kino kye kiseera ffenna okuvaayo tuvumirire ebikolwa eby'obukambwe era n'enneeyisa etesaana ey'ababaka ba paliyamenti." }, { "english": "Mr. President save us from forced removal.", "luganda": "Ow'ekitiibwa pulezidenti tutaase abo abaagala okutugobaganya." }, { "english": "We suspect that certain standards have not been met by the developers.", "luganda": "Tulowooza nti waliwo emitendera abo ababaga gye batatuukirizza." }, { "english": "Your people are at risk of forced eviction without another shelter.", "luganda": "Abantu bo boolekedde okugobwa basigale nga tebalina wa kusula." }, { "english": "We believe the meeting will allow us to come up with a clear understanding of the regulations.", "luganda": "Tusuubira nti olukungaana olwo lujja kutusobozesa okutegeera obulungi amateeka." }, { "english": "This kind of situation discourages further investigations and lowers all independent thinking.", "luganda": "Enbeera ng'ezo ziremesa okunoonyereza era ziremesa abantu okuwa endowooza yaabwe." }, { "english": "There is diversity in the way people do their research.", "luganda": "Okunoonyereza abantu bakukola mu ngeri ezitali zimu." }, { "english": "There was a highway robbery in Masaka.", "luganda": "Ababbi baateeze abantu ku luguudo lw'e Masaka ne bababba." }, { "english": "It is up to him to make the workers keep their faith in him.", "luganda": "Kiri eri ye okuleetera abakozi okusigala nga bamwesiga." }, { "english": "I was asked to pay six hundred thousand shillings as a court fine.", "luganda": "Kooti yandagira okuwa engassi ya mitwalo nkaaga." }, { "english": "I paid the fine and my cousin was released.", "luganda": "Nnasasula engassi ow'enganda zange n'ateebwa." }, { "english": "Milestones will guide the successful implementation of the project.", "luganda": "Ebintu ebikulu ebinaatuukibwako bijja kuyamba nnyo mu kutwala mu maaso omulimu." }, { "english": "Flexibility should be allowed per institution.", "luganda": "Buli kitongole kisaanidde okuweebwa omwagaanya." }, { "english": "Conferences are good for the students.", "luganda": "Enkungaana ziyamba abayizi." }, { "english": "It would be strange if that lady stands for a member of parliament.", "luganda": "Kijja kuba kyewuunyisa singa omukazi oyo yeesimbawo ku kifo ky'omubaka wa paliyamenti." }, { "english": "The two did not know each other before that race", "luganda": "Bwe baali tebannavuganya abo ababiri baali tebeemanyi" }, { "english": "When should we provide you with our bank account details?", "luganda": "Tukuwe ddi ebikwata ku bbanka akawunta yaffe?" }, { "english": "They used special keys to enter the bank.", "luganda": "Ebisumuluzo bye baakozesa okuyingira mu bbanka tebyali bya bulijjo." }, { "english": "He was shocked by the courage of the robbers.", "luganda": "Yeewuunya nnyo obuvumu ababbi abo bwe baalina." }, { "english": "He told them the General’s home was not the right place to kill him.", "luganda": "Yabagamba nti tekyali kituufu kuttira gyenero mu maka ge." }, { "english": "Institutions insist on different regulations during elections.", "luganda": "Ebitongole ebitali bimu byagala amateeka agagobererwa mu kiseera ky'okulonda gakyusibwe." }, { "english": "After some discussions the killers left.", "luganda": "Oluvannyuma lw'okubaako bye boogera abatemu baagenda." }, { "english": "Students should be able to report back to school in time.", "luganda": "Abayizi balina okudda ku ssomero mu budde." }, { "english": "This story raises more questions than it answers.", "luganda": "Ebyo ebyogerwa ku ekyo ekyaliwo bireetawo ebibuuzo ebirala bingi." }, { "english": "Traveling costs have to be incorporated into the project.", "luganda": "Ebisale by'entambula bisaanidde okulowoozebwako mu projekiti eyo." }, { "english": "After one bullet the crowd dispersed.", "luganda": "Oluvannyuma lw'essasi limu lyokka okukubwa abantu bonna baabuna emiwabo." }, { "english": "The behavior of the assassin sounds extremely unskillful.", "luganda": "Engeri abatemu abo gye beeyisaamu eraga nti tebaalina bumanyirivu n'akatono." }, { "english": "Why aim for the stomach instead of the head when boxing.", "luganda": "Mu muzannyo gw'ebikonde ekikulu kwe kukuba ku mutwe so si ku lubuto." }, { "english": "The head of intelligence would not call personally to direct such a mission with a stranger.", "luganda": "Oyo akulira ekitongole ekikessi yali tasobola kukuba ssimu kukwasaganya mulimu ogwo n'omuntu gw'atamanyi." }, { "english": "He would use his workers to get the job done.", "luganda": "Yakozesanga bakozi be okukola emirimu." }, { "english": "He would then prompt the killers to come out themselves.", "luganda": "Olwo yaleeteranga abatemu okwekukunulayo bokka." }, { "english": "Were the police statements released?", "luganda": "Ebiwandiiko bya poliisi byafulumizibwa?" }, { "english": "The other two suspects denied any involvement in the shooting.", "luganda": "Abantu abalala ababiri abaali bateeberezebwa okwenyigira mu butemu obwo beegaana." }, { "english": "The two struck a good relationship right from the start.", "luganda": "Ababiri abo baafuuka ba mukwano okuviira ddala ku ntandikwa." }, { "english": "Where do you live?", "luganda": "Obeera wa?" }, { "english": "My wife studied there for five years.", "luganda": "Mukyala wange yasomerayo okumala emyaka etaano." }, { "english": "I know him very well.", "luganda": "Mumanyi bulungi." }, { "english": "We are family friends.", "luganda": "Tuli mikwano gya famire yaabwe." }, { "english": "I know him his wife and their children.", "luganda": "Mmumanyi mmanyi ne mukyala we era n'abaana be." }, { "english": "They are like family to me.", "luganda": "Tulinga ba famire emu." }, { "english": "It was an Isuzu double cabin pickup with upper case number plates.", "luganda": "Yali piikaapu ey'ekika kya ddabokabini eyalina nnambapuleeti ey'ennukuta n'ennamba ennene." }, { "english": "We have since remained very close to personal and family friends.", "luganda": "Okuva olwo ffe ne famire yaabwe twafuuka ba mukwano nnyo." }, { "english": "The airlines charge a lot of money.", "luganda": "Kampuni z'ennyonyi zisaba ssente nnyingi." }, { "english": "The supplier has brought the internet.", "luganda": "Oyo atuusa ku bantu intaneeti agireese." }, { "english": "The movie theatre industry is growing in Uganda.", "luganda": "Abantu abazannya firimu mu Uganda beeyongedde." }, { "english": "The template is still a work in progress.", "luganda": "Ebibagiddwa bikyaliko omulimu." }, { "english": "The next forty-eight hours are important for the patient.", "luganda": "Essaawa 48 eziddako ziba nkulu nnyo eri omulwadde." }, { "english": "Individual discussions are needed with each student.", "luganda": "Kyetaagisa okwogerako n'abayizi kinnoomu." }, { "english": "No comments were allowed during the meeting.", "luganda": "Tewali yali akkirizibwa kubaako ky'ayogera mu lukungaana." }, { "english": "Meetings longer than two hours should be avoided.", "luganda": "Enkungaana tezisaanidde kutwala ssaawa zisukka mu bbiri." }, { "english": "In such a situation coping with the substitute product becomes the number one key priority.", "luganda": "Mu mbeera ng'eyo kiba kikulu okumanyiira ekyo ekiba kizze mu kifo kyakyo." }, { "english": "The industry structure has changed a lot since the COVID-19 lockdown.", "luganda": "Engeri ebintu gye bikolebwamu ekyuse nnyo okuva lwe bassaawo omuggalo gwa kkovidi kkumi na mwenda." }, { "english": "The COVID-19 test turned out negative.", "luganda": "Baamukebera ne batamuzuulamu kkovidi kkumi na mwenda." }, { "english": "The residents have complained about the noise from the quarry.", "luganda": "Abatuuze beemulugunya ku maloboozi agaleekaana agava mu kirombe." }, { "english": "Locals are engaged to deal with pressing issues such as early pregnancies and early marriage.", "luganda": "Abatuuze beenyigidde mu kulwanyisa ebizibu eby'amaanyi ebiriwo gamba ng'abaana okufuna embuto n'okuyingira obufumbo nga tebanneetuuka." }, { "english": "The film industry is picking up in Uganda.", "luganda": "Abantu bangi mu Uganda beeyongedde okwettanira okuzannya firimu." }, { "english": "The documentary was shot during the day and people can see themselves on the big screen discussing issues at night.", "luganda": "Emboozi eyo baagikwata mu budde bwa misana era ekiro abantu baba basobola okweraba ku lutimbe gaggadde nga bawa endowooza yaabwe ku bintu ebitali bimu." }, { "english": "The excitement that builds in the audiences arising from locals watching themselves is simply unbelievable.", "luganda": "Engeri abantu gye basanyukamu nga beerabye ku lutimbe yeewuunyisa nnyo." }, { "english": "Then comes the time when the audience is called to participate in on-the-spot skits using diverse techniques.", "luganda": "Kati ate ekiseera kituuka abantu ne basabibwa okuwa endowooza yaabwe naye nga babaguddeko bugwi." }, { "english": "The company was advised to make payments early.", "luganda": "Kampuni baagisaba okwanguwanga okusasula abakozi." }, { "english": "The trauma of the two-decade-long war effects is far from over.", "luganda": "Entiisa eyaleetebwawo olutalo olwamala emyaka 20 tennaggwa mu bantu." }, { "english": "The money was allocated at the right time.", "luganda": "Ssente zaagabibwa mu kiseera kituufu." }, { "english": "The communities have been empowered with agricultural skills.", "luganda": "Abantu batendekeddwa mu by'obulimi." }, { "english": "Young children need to always keep their minds fresh.", "luganda": "Abaana abato buli kiseera beetaaga okuwagala obwongo bwabwe." }, { "english": "Putting all these elements together gives them a chance to listen to the campaign managers.", "luganda": "Ebintu ebyo byonna bwe bireetebwa awamu kiwa abo abakulira kampeyini akakisa okuwulirizibwa." }, { "english": "It creates a lasting effect on the participants as opposed to lecturing them classroom style.", "luganda": "Kikwata nnyo ku abo abeenyigiramu mu kifo ky'okubafalaasira obufalaasizi nga balinga abali mu kibiina." }, { "english": "Women empowerment is one of the goals in the organization.", "luganda": "Ekimu ku bigendererwa by'ekibiina kwe kuyamba abakazi okwekkiririzaamu." }, { "english": "Sustainability is key to company success.", "luganda": "Okukuuma omutindo kye kimu ku bintu ebikulu ebiyamba kampuni okutuuka ku buwanguzi." }, { "english": "People should be trained in honey-making skills.", "luganda": "Abantu basaanidde okuyigirizibwa okukola omubisi." }, { "english": "Try to fill the fuel tank when you have a long journey.", "luganda": "Fubanga okujjuza ttanka y'amafuta ng'ogenda ku lugendo oluwanvu." }, { "english": "If your fuel runs low the engine might not receive a steady supply of fuel.", "luganda": "Singa amafuta gakendeera yingini eyinza obutafuna bulungi mafuta." }, { "english": "The tube that connects to the oil tank is leaking.", "luganda": "Olupiira oluyunga ku ttanka y'amafuta lutonnya." }, { "english": "Not having a steady supply of fuel will make your engine perform lesser than it should.", "luganda": "Yingini bw'etafuna bulungi mafuta tekola bulungi nga bw'erina kukola." }, { "english": "Slow down while driving in hilly areas.", "luganda": "Kendeeza sipiidi ng'ovugira mu bifo eby'ensozi." }, { "english": "The faster you move the harder your engine has to work to push the car through the wind.", "luganda": "Gy'okoma okwongera sipiidi ne yingini gy'ekoma okukola ennyo okusobozesa emmotoka okwanganga empewo." }, { "english": "Speeding can reduce fuel efficiency by up to thirty percent.", "luganda": "Okuvugira ku sipiidi ey'amaanyi kiyinza okukendeeza enkekkereza y'amafuta ebitundu asatu ku buli kikumi." }, { "english": "Drivers should accelerate their cars smoothly.", "luganda": "Abagoba b'ebidduka basaanidde okwongeza sipiidi mpolampola." }, { "english": "When the light turns green resist the urge to move faster ahead of the car next to you.", "luganda": "Ebitaala bwe byaka langi ya kiragala weewale okwanguwa okugenda mu maaso g'emmotoka ekuliraanye." }, { "english": "This keeps the engine at lower revolutions per minute thus using less fuel.", "luganda": "Ekyo kiyamba yingini okusigala nga yeetooloolera ku sipiidi eya wansi bw'etyo n'ekozesa amafuta matono." }, { "english": "Car engines usually are most efficient at low revolutions per minute.", "luganda": "Yingini y'emmotoka esinga kukola bulungi nga yeetooloolera ku sipiidi ya wansi." }, { "english": "Plan your route carefully.", "luganda": "Sookanga olowooze n'obwegendereza ku makubo g'ogenda okuyitamu." }, { "english": "The ambulances were deployed at the hospital.", "luganda": "Ambyulensi zaaleetebwa ku ddwaliro." }, { "english": "Take the route with the fewest stops and turns.", "luganda": "Vugira ku nguudo ezirimu okuyimirira okutono n'amakoona amatono." }, { "english": "Take highways instead of city streets when possible.", "luganda": "Bwe kiba kisoboka kozesa enguudo ennene emmotoka kwe ziddukira ku sipiidi mu kifo ky'okukozesa enguudo eziyita wakati mu kibuga." }, { "english": "Avoid braking wherever possible.", "luganda": "Weewale okulinnyalinnya ku bbuleeki bwe kiba kisoboka." }, { "english": "Braking consumes more fuel than driving at a constant speed.", "luganda": "Emmotoka bw'egenda esibasiba enywa amafuta mangi okusinga bwe kiba ng'ogivugidde ku sipiidi y'emu etaliimu kusibasiba." }, { "english": "Drive in neutral when you see a red light or traffic jam ahead.", "luganda": "Vugira mu nyuto bw'olengera ebitaala nga byaka langi emmyufu oba ng'olengedde jaamu." }, { "english": "Do not use an air conditioner it consumes more fuel.", "luganda": "Tokozesa byuma bya mpewo (air conditioner) kubanga binywa amafuta mangi." }, { "english": "Highway speed cars get better distance coverage with the Alternating", "luganda": "Emmotoka eddukira ku sipiipi etambula olugendo lunene ku mafuta matono" }, { "english": "Driving with windows at high speed reduces fuel efficiency.", "luganda": "Okuvugira ku sipiidi ng'amadirisa maggule kinywa amafuta mangi." }, { "english": "Find your car’s manual.", "luganda": "Funa akatabo akawa obulagirizi ku nkozesa y'emmotoka yo." }, { "english": "Some cars get better mileage at specific speeds like fifty miles per hour.", "luganda": "Emmotoka ezimu zinwa amafuta matono ng'ozivugidde ku sipiidi emu gamba nga miyiro ataano buli ssaawa." }, { "english": "Each car has a maximum speed.", "luganda": "Buli mmotoka erina sipiidi kw'ekoma." }, { "english": "Each car is only allowed to carry three passengers.", "luganda": "Buli mmotoka ekkirizibwa kutwala basabaze basatu." }, { "english": "All the cars will be inspected at the border.", "luganda": "Emmotoka zonna zijja kukeberebwa ku nsalo." }, { "english": "Use natural oil in your car to save on average five percent gas.", "luganda": "Kozesa woyiro atali mukolerere kikuyambe okukekkereza amafuta ebitundu bitaano ku buli kikumi." }, { "english": "Change it according to your vehicle manufacturer’s recommendations for oil.", "luganda": "Kyusa woyiro okusinziira ku bulagirizi bw'abaakola emmotoka eyo." }, { "english": "Extending oil change intervals can be harmful to the life of your engine.", "luganda": "Okulwawo okukyusa woyiro kyonoona yingini y'emmotoka yo." }, { "english": "If you cannot use a natural oil choose the lightest oil possible.", "luganda": "Bw'oba tosobola kufuna woyiro atali mukolerere gezaako okufuna atali mukolerere nnyo." }, { "english": "When getting your oil changed use a natural oil additive.", "luganda": "Bw'oba okyusa woyiro ggatamu bintu bya mu butonde." }, { "english": "The border patrol police have to check all the passengers.", "luganda": "Poliisi y'oku nsalo erina okukebera abantu bonna abatambulira mu mmotoka." }, { "english": "Fuel cards were provided for the ambulances.", "luganda": "Ambyulensi zaaweebwa kaadi z'amafuta." }, { "english": "The passport renewal office is now open.", "luganda": "Ofiisi ezza obuggya pasipooti kati nzigule." }, { "english": "Many cars have buttons that allow turning off the overdrive gear.", "luganda": "Emmotoka nnyingi zirina amapeesa agasobozesa yingini okwetooloolera ku sipiidi y'emu ng'ate tereekaana nnyo." }, { "english": "Do not turn the car engine off.", "luganda": "Tozikiza yingini ya mmotoka." }, { "english": "Overdrive saves you gas mileage at higher speeds.", "luganda": "Okuvugira mu ggiya emu esingayo okuba waggulu kikkekkereza amafuta ng'ovugira ku sipiidi eya waggulu." }, { "english": "This places the engine at a more efficient operating point by reducing choking losses.", "luganda": "Kino kiteeka yingini mu mbeera esingayo obulungi mw'eyinza okukolera." }, { "english": "Learn to watch and foresee traffic signals.", "luganda": "Weemanyiize okutunuulira n'okulengera nga bukyali obubonero bw'oku nguudo." }, { "english": "Stop and go driving is wasteful.", "luganda": "Okuvuga ng'oyimirirayimirira buli kiseera kinywa amafuta mangi." }, { "english": "It is good to keep a safe distance when driving.", "luganda": "Bw'oba ovuga kikulu okulekawo ebbanga erimala wakati wo n'emmotoka endala." }, { "english": "You will brake more and accelerate more to keep that dangerous narrow gap.", "luganda": "Bw'olekawo ebbanga ettono ennyo kijja kukwetaagisa okusibasiba n'okwongezayongeza sipiidi buli kaseera." }, { "english": "Relax everything shall be alright.", "luganda": "Kkakkana buli kimu kijja kuba bulungi." }, { "english": "The ambulances have to serve the entire western region.", "luganda": "Ambyulensi ezo ze zirina okukozesebwa mu bitundu by'omu bugwanjuba mwonna." }, { "english": "The hair oil has helped to avoid all the itching.", "luganda": "Woyiro w'enviiri annyambye okumalawo okusiiyibwa kwonna." }, { "english": "How often do you use the hair treatment?", "luganda": "Woyiro w'enviiri omukozesa mirundi emeka." }, { "english": "Everyone needs to understand their hair journey.", "luganda": "Buli omu alina okutegeera obulungi enviiri ze." }, { "english": "Herbal oils can also be used in tea.", "luganda": "Woyiro eyakolebwa mu bintu by'obutonde asobola n'okuteekebwa mu caayi." }, { "english": "Herbal oils can be used for massage.", "luganda": "Woyiro eyakolebwa mu bintu by'obutonde asobola okukozesebwa mu kumasaaginga." }, { "english": "There are several hair types.", "luganda": "Waliwo ebika by'enviiri bingi." }, { "english": "Each person needs to understand their hair type.", "luganda": "Buli muntu alina okutegeera obulungi ekika ky'enviiri ze." }, { "english": "When shopping one has to ensure that they fit within their budget.", "luganda": "Bw'oba ogula ebintu kikulu okukakasa nti ogya mu bajeti yo." }, { "english": "We should try to finish our work on time.", "luganda": "Tusaanidde okumaliriza emirimu gyaffe mu budde." }, { "english": "The oxygen tanks are all empty.", "luganda": "Ttanka za oxygen zonna nkalu." }, { "english": "Ambulances should be equipped with oxygen.", "luganda": "Ambyulensi zirina okubaamu oxygen." }, { "english": "In this situation ambulances are very necessary.", "luganda": "Olw'embeera eno eriwo ambyulensi zeetaagibwa nnyo." }, { "english": "Have your say during the election.", "luganda": "Wa ekirowoozo kyo mu kiseera ky'okulonda." }, { "english": "She gave sound reasons but was disappointed in her conclusion.", "luganda": "Yayogera bulungi naye bye yakomekkereza nabyo byali bimalamu amaanyi." }, { "english": "He is studying to confirm whether they are withdrawing a planned move.", "luganda": "Yeetegereza alabe obanga basazaamu pulaani yaabwe." }, { "english": "They were surprised to see the president smiling and waving his cap.", "luganda": "Beewuunya nnyo okulaba pulezidenti ng'amwenya era ng'awuuba enkoofiira ye." }, { "english": "It is unusual of him to do this work.", "luganda": "Tatera kukola mulimu guno." }, { "english": "I would like to show this by examining the main issues.", "luganda": "Njagala okulaga kino nga njogera ku nsonga enkulu." }, { "english": "Further criticism was put on the other presidential candidates.", "luganda": "Beeyongera okuvumirira abalala abeesimbyeyo ku ntebe y'obwa pulezidenti." }, { "english": "Foreign commentators are guilty of many shortcomings.", "luganda": "Abatunuulizi ab'ebweru balina ensobi nnyingi ze bakoze." }, { "english": "The country has a history of discrimination and violence.", "luganda": "Ensi eyo ebaddemu obusosoze n'ebikolwa eby'obukambwe bingi." }, { "english": "I would like to show this through a quick examination of the main issues.", "luganda": "Kino njagala okukiraga nga njogera ku nsonga enkulu." }, { "english": "The debate about the country’s leadership has been conducted earlier.", "luganda": "Guno si gwe mulundi ogusoose ensonga ekwata ku bukulembeze bw'eggwanga lino okukubaganyizibwako ebirowoozo." }, { "english": "It is hard to have children concentrate in online classes.", "luganda": "Tekiba kyangu baana kussaayo birowoozo nga basomera ku intaneeti." }, { "english": "The National Revolutionary Movement for Development had been removed.", "luganda": "Mu kusooka ekibiina kya National Revolutionary Movement for Development kyali kyagibwawo." }, { "english": "It chose to stick to harmony and lead the formation of national unity.", "luganda": "Kyasalawo okukulembeza obumu era ne kikulemberamu mu kuteekebwawo kw'omukago gw'ebibiina." }, { "english": "These steps were taken to build a system based on oneness politics.", "luganda": "Ebintu ebyo byakolebwa okusobola okussaawo enkola esobozesa okuleetawo obumu mu by'obufuzi." }, { "english": "It had no plan of choking other actors and occupying political space.", "luganda": "Tekyalina kiruubirirwa kya kulemesa bibiina birala kyo kyegazaanyize mu kisaawe ky'eby'obufuzi." }, { "english": "It chose to ignore popular opinion together with other parties.", "luganda": "Kyasalawo obutagoberera ndowooza ya bangi awamu n'ebibiina ebirala." }, { "english": "Use history to build a functioning multi-party system.", "luganda": "Mukozese ebyafaayo okuzimba enkola y'ebibiina by'obufuzi ekola obulungi." }, { "english": "The meetings have been held online.", "luganda": "Enkungaana zibadde zifunirwa ku intaneeti." }, { "english": "The objective is to fake unity about how to move forward.", "luganda": "Ekigendererwa kya kukkaanya ku ngeri y'okugenda mu maaso." }, { "english": "What happened in the political arena as a result of unity among the elites.", "luganda": "Ebyaliwo kisaawe ky'eby'obufuzi byava ku kukkaanya okwaliwo wakati w'abantu ab'amaanyi." }, { "english": "Admittedly some have fled over the years.", "luganda": "Ekituufu kiri nti emyaka bwe gigenze giyitawo abamu badduse." }, { "english": "They are members of well-resourced and media anti-government exile groups.", "luganda": "Ba mu bibiina ebivumirira gavumenti ebivuggirirwa obulungi." }, { "english": "Two parties have agreed to settle the matter.", "luganda": "Ebibiina bibiri bikkirizza okugonjoola ensonga." }, { "english": "Recently other political groups have fulfilled the strict requirements.", "luganda": "Gye buvuddeko ebibiina by'obufuzi ebirala nabyo byatuukiriza ebisaanyizo ebiteekeddwa okutuukirizibwa." }, { "english": "Political groups have been registered as political parties now they are ten.", "luganda": "Ebibiina ebyo byawandiisibwa mu butongole ng'ebibiina by'obufuzi era kati ebibiina ebiwandiisiddwa biri kkumi." }, { "english": "It is split into competing groups.", "luganda": "Kyeyawulamu ebibinja ebivuganya." }, { "english": "As a result he could not contest in the presidential elections.", "luganda": "Bwe kityo yali tasobola kwesimbawo kuvuganya ku ntebe y'obwa pulezidenti." }, { "english": "Two other groups are seeking to register.", "luganda": "Ebibiina ebirala bibiri nabyo byagala kwewandiisa." }, { "english": "Popular media have decided to label these three parties.", "luganda": "Emikutu gy'empuliziganya emimanyifu gisazeewo okumenya amannya g'ebibiina ebyo ebisatu." }, { "english": "They have failed to ask whether the decision is permanent or uncertain.", "luganda": "Balemeddwa okubuuza obanga ekisaliddwawo kya nkomeredde oba si kya nkomeredde." }, { "english": "The country has a functioning and state-funded forum of political parties.", "luganda": "Eggwanga lirina enkola gye lissaamu ssente esobozesa ebibiina by'obufuzi okuddukanyizibwa obulungi." }, { "english": "All registered parties with or without representation in parliament participate.", "luganda": "Ebibiina byonna ebyewandiisa byenyigiramu ka kibe nti birina abakiise mu paliyamenti oba nedda." }, { "english": "Its aim was to ensure that parties without representation have their own space.", "luganda": "Ekiruubirirwa kyakyo kyali kya kukakasa nti ebibiina ebitalina bakiise bifuna ekifo kyabyo." }, { "english": "It shall make their views on important issues known to Parliament.", "luganda": "Kijja kumanyisa paliyamenti endowooza gye birina ku nsonga enkulu." }, { "english": "Until two thousand six political parties were stopped from opening branches.", "luganda": "Okutuusa kumi biiri mumukaga ebibiina by'obufuzi byali tebikkirizibwa kuggulawo matabi." }, { "english": "Nor do they bother with another supposed fact.", "luganda": "Era tebafuddeyo na ku birala ebireeteddwa ng'obukakafu." }, { "english": "Today one can see party flags flying high at local offices.", "luganda": "Leero kyangu okulaba ebibiina by'obufuzi ebitali bimu nga bitimbye bbendera zaabyo ku ofiisi zaabyo." }, { "english": "The party flags are a sure sign of grassroots party activity.", "luganda": "Bbendera z'ebibiina ziba ziraga nti waliwo emirimu gy'ekibiina egitambula." }, { "english": "I have run into them in academic forums across the globe.", "luganda": "Mbasisinkanyeeko mu misomo egitali gimu mu nsi ezitali zimu." }, { "english": "There are three things to remember here.", "luganda": "Waliwo ebintu bisatu bye tusaanidde okujjukira wano." }, { "english": "The party's control by the state entered every aspect of people’s lives.", "luganda": "Gavumenti okuba n'obuyinza ku kibiina kikutte ku mbeera z'obulamu bw'abantu zonna." }, { "english": "It had a victory and an army that had come to be viewed as strong.", "luganda": "Kyalina obuwanguzi n'eggye ebyali bitwalibwa okuba eby'amaanyi." }, { "english": "Its members fled before the eyes of the people they controlled for so long.", "luganda": "Abantu baakyo badduka ng'abantu be baali bafugidde ebbanga eddene balaba." }, { "english": "The country’s recent history renders the notable sign of fear expected.", "luganda": "Ebibaddewo mu ggwanga gye buvuddeko bisuubirwa okuleetawo okutya mu bantu." }, { "english": "The country has been engulfed with fear.", "luganda": "Abantu mu ggwanga bali mu ntiisa." }, { "english": "His house was misplaced among the multi-roomed properties behind the high fences.", "luganda": "Ennyumba ye ebulidde mu mayumba amanene ag'ebisenge ebingi emabega w'ebikomera ebiwanvu." }, { "english": "A house is the dream of almost every adult Ugandan.", "luganda": "Kumpi buli Munnayuganda akuze aba n'ekirooto eky'okuzimba ennyumba." }, { "english": "Up to fifty-eight percent rent and the rent in Uganda is very high.", "luganda": "Ebitundu 58 ku buli kikumi eby'ebisale by'okupangisa ennyumba era ebisale by'okupangisa ennyumba mu Uganda biri waggulu nnyo." }, { "english": "Only twenty-seven percent rent main house units.", "luganda": "Ebisale by'okupangisa ennyumba ennene biri ebitundu 27 ku buli kikumi byokka." }, { "english": "Rent goes for far less as one moves away from prime locations.", "luganda": "Ebisale by'okupangisa ennyumba bikka nnyo ng'omuntu avuddeko katono mu bifo ebyettanirwa ennyo." }, { "english": "However rent is still higher than elsewhere in the region.", "luganda": "Naye era ebisale by'okupangisa ennyumba bikyali waggulu okusinga bwe kiri mu mawanga ageetooloddewo." }, { "english": "That is where the desire to own a house starts.", "luganda": "Ekyo kye kireetera abantu okwagala okufuna ennyumba eyaabwe ku bwabwe." }, { "english": "This method is laughed at as old-fashioned.", "luganda": "Eyo bangi bagitwala ng'enkola enkadde." }, { "english": "Real estate developers want income earners to run to the bank for a mortgage.", "luganda": "Kampuni ezizimba amayumba zaagala abantu abakolerera omusaala okugenda mu bbanka beewole ssente ez'okugula ennyumba." }, { "english": "One buys the plot and builds at their pace without pressure.", "luganda": "Omuntu agula ekibanja n'azimba ennyumba ku sipiidi ye awatali kimupapya." }, { "english": "The downside is that few people can raise the cash required to put up a house.", "luganda": "Eby'embi biri nti abantu batono nnyo abasobola okufuna ssente ezeetaagisa okuzimba ennyumba." }, { "english": "The build and sell section of the housing sector had seen major growth.", "luganda": "Kampuni ezizimba amayumba oluvannyuma ne zigatunda zeeyongedde nnyo." }, { "english": "The unreasonably high prices have created a surplus over the period.", "luganda": "Olw'okuba emiwendo giri waggulu amayumba agazimbiddwa mangi okusinga ku ago abantu ge basobola okugula." }, { "english": "The favorite way offloading houses built through mortgage financing is now popular.", "luganda": "Engeri esingayo okweggyako amayumba agazimbiddwa ku nkola ey'okufuna ebbanja." }, { "english": "Mortgage products are hidden slow to process and unsuited to the market.", "luganda": "Ebintu ebifunibwa ku bbanja byekusifu birimu emisoso mingi era tebituukana na mbeera y'abantu mu ggwanga." }, { "english": "Most of them are self-employed.", "luganda": "Abasinga beekozesa bokka." }, { "english": "Prime Minister’s and President’s Office share part of the resettlement cash.", "luganda": "Ofiisi ya Ssaabaminisita n'eya Pulezidenti zisasulako erimu ku bbanja." }, { "english": "They got to find out the arrangements through the media.", "luganda": "Enteekateeka eyo baagitegeerako okuyitira ku mikutu gy'empuliziganya." }, { "english": "The survivors wrote four petitions to the Prime Minister.", "luganda": "Abaawonawo baawandiikira Ssaabaminisita ne bamusaba ebintu bina." }, { "english": "Being resettled in Bunambutye was unacceptable due to the harsh climatic conditions.", "luganda": "Okusengulwa okutwalibwa e Bunambutye tekyali kirungi olw'embeera y'obudde embi ennyo." }, { "english": "We are not sure of their cooperation with us.", "luganda": "Tetumanyi obanga bakolagana naffe." }, { "english": "The land was also experiencing floods and crops like cassava were rotting.", "luganda": "Ekitundu ekyo era kyali kifuna amataba era ebimera nga muwogo byali bivunda." }, { "english": "The resettlement exercise will start two weeks after the tour.", "luganda": "Okusengula abantu kujja kutandika nga wayise wiiki bbiri oluvannyuma lw'okulambula." }, { "english": "The government wants to construct simple houses for the victims.", "luganda": "Gavumenti eyagala okuzimbira abaakosebwa obuyumba obwangu." }, { "english": "The first phase of resettlement begins in September.", "luganda": "Abantu abanaasooka okusengulwa bajja kusengulwa mu Ssebutemba." }, { "english": "Ten billion shillings were put aside to handle the resettlement.", "luganda": "Obukadde kkumi bwe bwassibwawo okukozesebwa mu nteekateeka ey'okusengula abantu." }, { "english": "The telecom firms charge one another for cross-network calls.", "luganda": "Kampuni z'amasimu zeesasuza olw'amasimu agakubwa nga gasala layini." }, { "english": "The Commission informs the public that interconnection rates shall be applied as default.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'empuliziganya kitegeeza abantu nti ebisale by'amasimu agakubibwa nga gasala layini bijja kussibwawo nga tebikyuka." }, { "english": "Most of the mobile telephone customers are on the Safaricom network.", "luganda": "Abantu abasinga obungi abalina amasimu g'omu ngalo bali ku layini ya Safaricom." }, { "english": "The telecom giant gives better rates to call within its network.", "luganda": "Ekitongole kya masimu ekyo kisasuza ssente ntono okusinga ebitongole ebirala ku masimu agakubibwa nga tegasala layini." }, { "english": "The target was to discourage calls to other networks.", "luganda": "Baalina ekigendererwa eky'okuleetera abantu obutakuba masimu ku layini za bitongole birala." }, { "english": "It controls about sixty percent of the market share.", "luganda": "Kyefuze ebitundu nga mukaaga ku buli kikumi eby'akatale." }, { "english": "Its customers cannot easily switch to other networks.", "luganda": "Si kyangu bakasitoma baabwe kukyusa layini yaabwe kudda ku ndala." }, { "english": "They would pay higher charges per call.", "luganda": "Baba bajja kusasula ssente nnyingiko ku buli ssimu gye bakuba." }, { "english": "A call is delivered at a point of interconnection in the zone indicated by the called number.", "luganda": "Essimu etuuka w'eyungirwa mu kitundu okusinziira ku nnamba y'essimu eba ekubiddwa." }, { "english": "The near-end termination charge applies to calls delivered to a point of interconnection.", "luganda": "Ebisale by'amasimu bisinziira ku kifo amasimu we gayungira." }, { "english": "Basic transit shall be the termination charge for the respective destination.", "luganda": "Entambuza y'amasimu y'ejja okusinziirwako okugera ebisale by'amasimu agakubwa mu bifo ebitali bimu." }, { "english": "The charges will be uniform.", "luganda": "Ebisale bijja kuba bye bimu." }, { "english": "The interconnection fees stayed high.", "luganda": "Ebisale by'okuyunga amasimu byasigala waggulu." }, { "english": "The campaigns enable customers to call within their networks at big discount rates.", "luganda": "Kaweefube oyo asobozesa bakasitoma okukuba amasimu ku layini y'emu ku bisale ebitono ddala." }, { "english": "The eighty-three minutes of call time are between six in the morning to six in the evening", "luganda": "Eddakiika 83 ez'okukubiramu essimu ziva ku ssaawa kumi na bbiri ez'okumakya okutuusa ku kumi na bbiri ez'akawungeezi." }, { "english": "Calls on other networks would be charged at three hundred forty shillings.", "luganda": "Essimu ezikubibwa ku layini za kampuni endala ziba za bisatu mu ana." }, { "english": "Mobile Telephone companies have increased tax on the internet.", "luganda": "Kampuni z'amasimu zongezza omusolo ku intaneeti." }, { "english": "Most people will not afford that tax.", "luganda": "Abantu abasinga obungi tebajja kusobola kusasula musolo ogwo" }, { "english": "This has pushed Ugandans to acquire multiple sim cards to benefit from low call rates.", "luganda": "Ekyo kiwalirizza Bannayuganda okufuna kaadi z'amasimu eziwerako okusobola okukuba amasimu ku bisale ebitono." }, { "english": "She carries three mobile phones in her bag each for a different network.", "luganda": "Atambula n'amasimu ag'omu ngalo asatu mu nsawo ye nga buli emu erimu layini ya kampuni ndala." }, { "english": "This is the best way to keep call bills low.", "luganda": "Eyo ye ngeri esingayo obulungi omuntu gy'ayinza okukendeeza ku ssente z'asaasaanyiza ku kukuba amasimu." }, { "english": "She only loads airtime on the line she wants to use at a particular time.", "luganda": "Eyatayimu amussa ku layini gy'aba ayagala okukozesa." }, { "english": "On her part she has got sim cards for all networks.", "luganda": "Ye alina layini ya buli kampuni." }, { "english": "She has only one mobile handset.", "luganda": "Alina essimu emu yokka ey'omu ngalo." }, { "english": "My friends just need to alert me and I switch to their preferred line.", "luganda": "Mikwano gyange gintemyako butemya ne nteekamu layini gye baagala okukozesa okunkubira." }, { "english": "Promotions resulted from stiff competition among the telecom companies.", "luganda": "Pulomoosoni zajjawo olw'okuvuganya okw'amaanyi okuliwo wakati wa kampuni z'amasimu." }, { "english": "Which calls for more creativity.", "luganda": "Ekyo kizireetera okwongera okuyiiya." }, { "english": "Do you have a Warid line?", "luganda": "Olina layini ya Warid?" }, { "english": "The promotions apply only to subscribers and are short-term.", "luganda": "Pulomoosoni zikozesebwa abo abazisaba era zitwala ekiseera kitono." }, { "english": "The flat mobile telephone call rate is three hundred forty shillings.", "luganda": "Ebisale eby'awamu eby'okukuba amasimu ebyagerekebwa biri siringi bisatu mu ana." }, { "english": "Kenya's currency is still higher than Uganda's currency.", "luganda": "Ssente za Kenya zikyali za maanyi okusinga ku za Uganda." }, { "english": "Uganda's currency has dropped over the last six months.", "luganda": "Ssente za Uganda zigudde ebbeeyi mu myezi omukaaga egiyise." }, { "english": "There is nothing yet to show for it in terms of tax reductions.", "luganda": "Tewali kirala kya kulaga mu nsonga y'okukendeeza emisolo." }, { "english": "Telecom companies are secretive on doing the new interconnection fee", "luganda": "Ebitongole by'amasimu bisirikidde ensonga y'ebisale by'amasimu ebipya" }, { "english": "It has earmarked one hundred million United States dollars to expand its network.", "luganda": "Kitaddewo ddoola z'Amerika obukadde kikumi okukozesebwa mu kugaziya empeereza yaakyo." }, { "english": "The interconnection fee for mobile telephone calls is one hundred thirty-one shillings.", "luganda": "Ebisale by'amasimu agatasala layini biri siringi kikumi mu asatu." }, { "english": "The government also charges a thirty percent tax on mobile telephone calls.", "luganda": "Gavumenti era esala omusolo gwa bitundu 30 ku buli kikumi ku masimu agakubibwa." }, { "english": "He did not give details about the robbery.", "luganda": "Teyayogera kalonda yenna akwata ku bubbi obwaliwo." }, { "english": "The robbery occurred last night.", "luganda": "Obubbi obwo bwabaddewo ekiro ekikeesezza olwaleero." }, { "english": "After taking a while without reporting the officer was disarmed.", "luganda": "Oluvannyuma lw'okutwala ekiseera kiwanvu nga tanneeyanjulayo omusirikale yaggibwako emmundu." }, { "english": "The Joint Anti-Terrorist Task Force car was never recovered.", "luganda": "Emmotoka y'ekitongole ekirwanyisa obutujju teyazuulwa." }, { "english": "Six percent of Ugandans can’t afford clean water.", "luganda": "Bannayuganda ebitundu nkaaga ku buli kikumi tebasobola kufuna mazzi mayonjo." }, { "english": "We are investigating the tree planting project.", "luganda": "Tunoonyereza ku projekiti y'okusimba emiti." }, { "english": "We have shillings two hundred million for education on coffee production.", "luganda": "Tulinawo obukadde bibiri obw'okukozesa mu kuyigiriza abantu okukola kaawa." }, { "english": "One hundred million shillings was set aside for disaster preparedness.", "luganda": "Obukadde kikumi bwassibwawo okukozesebwa ku bigwa bitaraze." }, { "english": "about five hundred left their homes and took refuge in camps.", "luganda": "Abantu nga bitaano baava mu maka gaabwe ne baddukira mu nkambi." }, { "english": "Reaction from the locals to coffee revival has shown new challenges.", "luganda": "Engeri abantu gye batuttemu enteekateeka y'okuddaabulula emwanyi ereseewo okusoomooza okulala." }, { "english": "We should sign a memorandum of understanding to borrow money and machinery.", "luganda": "Tusaanidde okussa omukono ku ndagaano ey'okwewola ssente n'ebyuma eb'okukozesa." }, { "english": "A metal detector is run across the passenger’s body and luggage searching for explosives.", "luganda": "Akuuma akakebera kayisibwa ku mubiri gw'omusaabaze ne ku ngugu ye." }, { "english": "But there are fewer passengers than usual noticing his calls.", "luganda": "Naye kati abasaabaze batono abassaayo omwoyo ku by'ayogera." }, { "english": "Yes people are traveling out of the town but those coming in are few.", "luganda": "Yee abantu bafuluma ekibuga naye abakiyingira batono." }, { "english": "As suspected bombs are reported in the news the situation is not safe.", "luganda": "Nga bwe kibadde kisuubirwa alipoota ezikwata ku bbomu zifulumira mu mawulire era embeera ya bunkenke." }, { "english": "I enter a local clothing shop and speak to the woman manager.", "luganda": "Nyingira mu dduuka ly'engoye ne njogerako n'omukazi aliddukanya." }, { "english": "Things are very bad in the district.", "luganda": "Ebintu bibi nnyo mu disitulikiti." }, { "english": "Customers are scared and their numbers have reduced.", "luganda": "Bakasitoma bali mu kutya era bakendedde." }, { "english": "If things continue in this way our businesses will collapse.", "luganda": "Singa ebintu byeyongera biti bizineesi zaffe zijja kugwa." }, { "english": "We have to pay rent transport buy lunch yet we are not earning.", "luganda": "Tulina okusasula ez'obupangisa entambula n'okugula emmere kyokka ng'ate tetuyingiza ssente." }, { "english": "Roads are being repaired by the ministry.", "luganda": "Ekitongole kikola ku makubo." }, { "english": "People are not buying as they were before the bombs killed people.", "luganda": "Abantu tebakyagula nga bwe kyali nga bbomu tezinnatta bantu." }, { "english": "We hope things will soon improve.", "luganda": "Ka tusuubire nti mu kaseera katono ebintu binaatereera." }, { "english": "Few people on the street and for once it looks clean.", "luganda": "Abantu batono be bali ku nguudo era gwe mulundi ogusoose enguudo okulabika nga nnyonjo." }, { "english": "People are following the police`s advice of being alert.", "luganda": "Abantu bakolera ku mulanga gwa poliisi ogw'okusigala nga bali bulindaala." }, { "english": "Kampala City Traders Association is a group of different traders operating in Kampala.", "luganda": "Ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala kirimu abasuubuzi abatali bamu abakolera mu Kampala." }, { "english": "When the bombs went off business declined.", "luganda": "Bbomu bwe zaabwatuka bizineesi zadda emabega." }, { "english": "The impact has long-term effects.", "luganda": "Ekyo kijja kukosa abantu okumala ebbanga ddene." }, { "english": "The bombings have also shaken local relationships in the marketplace.", "luganda": "Bbomu era zikosezza enkolagana mu bantu mu katale." }, { "english": "Customers would buy goods from me every day.", "luganda": "Bakasitoma bangulangako ebintu buli lunaku." }, { "english": "After shopping ensure that you pay for all the fruits.", "luganda": "Oluvannyuma lw'okugula ebintu kakasa nti osasulira ebibala byonna." }, { "english": "It is now difficult for business owners to continue this practice.", "luganda": "Kati kizibu eri abalina bizineesi okweyongerayo ne projekiti eno." }, { "english": "They do not know why all the cows have disappeared.", "luganda": "Tebamanyi nsonga lwaki ente zonna zibuze." }, { "english": "Everyone in the village is suspicious of the other.", "luganda": "Buli omu ku kyalo yeekengera munne." }, { "english": "The impact has spread to the rural areas.", "luganda": "Kikosezza n'ebitundu by'omu byalo." }, { "english": "The economic impact is being felt in several places.", "luganda": "Embeera y'eby'enfuna ekalubye mu bitundu ebitali bimu." }, { "english": "These businesses have been closed since last year.", "luganda": "Bizineesi zino zigaddwa okuva omwaka oguwedde." }, { "english": "The collateral damage that occurred is difficult to put in monetary terms.", "luganda": "Amabanja abantu ge baguddemu mangi nnyo." }, { "english": "Only the owners of these places know how much they lost.", "luganda": "Bannanyini bifo ebyo be bokka abamanyi ssente mmeka ze bafiiriddwa." }, { "english": "Even the businesses surrounding these areas are feeling the impact.", "luganda": "Ne bizineesi ezeetooloddewo nazo zikoseddwa." }, { "english": "The prisoners were very traumatized.", "luganda": "Abasibe baakubwa entiisa ya maanyi." }, { "english": "The business community counts its losses.", "luganda": "Bannabizineesi babalirira ssente ze bafiiriddwa." }, { "english": "What were the challenges during your time as Chief Executive Officer?", "luganda": "Kusoomooza ki kwe wasanga ng'oweereza nga Chief Executive Officer?" }, { "english": "The biggest challenge was low output especially of Mangalore tiles.", "luganda": "Okusoomooza okusinga obunene kwali kwa kuba nti omuwendo gwa tayiro za Mangalore ogwali gufuluma gwakendeera." }, { "english": "We could offload three hundred tiles yet a house takes three thousand tiles.", "luganda": "Twatikkulanga tayiro bisatu ng'ate ennyumba eba yeetaagisa tayiro nkumi ssatu." }, { "english": "We overcame that big problem because one can now buy the tiles off-shelf.", "luganda": "Twavuunuka ekizibu ekyo ekinene kubanga kati omuntu asobola okugula tayiro ezo ku maduuka." }, { "english": "My first instinct in management is to have people do a job.", "luganda": "Kye nsooka okwagala nga maneja kwe kuleka abantu okukola omulimu." }, { "english": "I have built a strong and dedicated team of young professionals.", "luganda": "Kati nnina ttiimu y'abavubuka abamalirivu era abakuguse mu mirimu." }, { "english": "Most of my top managers are in their forties.", "luganda": "Bangi ku bamaneja bange bali mu myaka ana." }, { "english": "My second contribution has been on strategy.", "luganda": "Ekintu eky'okubiri kye ngasseeko kwe kuba ne ppulaani." }, { "english": "We have a very good strategy in defeating this line of business.", "luganda": "Tulina ppulaani ennungi enneetusobozesa okuwangula bizineesi eno." }, { "english": "We make very heavy clay products.", "luganda": "Ebintu bye tukola mu bbumba bizitowa nnyo." }, { "english": "So to beat a market you must move closer to the customers.", "luganda": "N'olwekyo okusobola okuvuganya obulungi mu matale oba weetaaga okuba okumpi ne bakasitoma." }, { "english": "Kenyans are wealthier than us yet they do not have good tiles.", "luganda": "Bannakenya bagagga okutusinga kyokka ng'ate tayiro zaabwe si nnungi." }, { "english": "What is the worst decision you ever made at Clays?", "luganda": "Kusalawo ki okusingayo obubi kwe wali okoze ng'okola nga maneja wa Clays?" }, { "english": "I was fifty-four years old when I got married.", "luganda": "Nnalina emyaka ataano mu ena lwe nnayingirira obufumbo." }, { "english": "After my retirement workers went on strike the situation worsened", "luganda": "Bwe nnawummula ku mulimu abakozi beekalakaasa era embeera yasajjuka." }, { "english": "We are dealing with people who have no respect for human life.", "luganda": "Kati abantu be tukolagana nabo tebassa kitiibwa mu bulamu bw'abantu." }, { "english": "I have never seen a sitting president arrested by the host country.", "luganda": "Sirabanga ku pulezidenti yenna akyali mu ntebe ng'akwatibwa eggwanga erimukyazizza." }, { "english": "He expressed a desire to see the United States of Africa.", "luganda": "Yali ayagala okulaba amawanga ga Afirika nga gagattiddwa wamu okufuuka eggwanga limu eriyitibwa United States of Africa." }, { "english": "He wrapped a blanket around himself to keep him warm.", "luganda": "Yeezingiriranga bbulangiti okusobola okubuguma." }, { "english": "The boat was rescued by the fishermen.", "luganda": "Eryato lyataasibwa abavubi." }, { "english": "The boat was damaged on Lake Kyoga as they were fishing.", "luganda": "Eryato lyafuna akamogo bwe baali bavubira mu Nnyanja Kyoga." }, { "english": "The water patrol rescued the fishermen.", "luganda": "Poliisi y'oku nnyanja yanunula abavubi." }, { "english": "Four people survived by holding onto pieces of the boat wreckage.", "luganda": "Abantu bana baawonawo nga beekwata ku bipampagalo by'eryato." }, { "english": "This raises serious issues of safety in our water transport system.", "luganda": "Kino kireetawo obulabe bwa maanyi ku ntambula ey'oku mazzi." }, { "english": "It is tragic to lose lives to water accidents when they could be avoided.", "luganda": "Kya nnaku abantu okufiira mu bubenje bw'oku nnyanja ate nga busobola okwewalibwa." }, { "english": "What happened to the government’s regulation to wear life jackets?.", "luganda": "Kiki ekyatuuka ku mateeka ga gavumenti agakwata ku kwambala bujaketi obutaasa obulamu?" }, { "english": "There should also be water traffic officers to control water transport.", "luganda": "Walina okubaawo abapoliisi abalawuna ennyanja okukakasa nti amateeka g'entambula y'oku mazzi gagobererwa." }, { "english": "But will that work given that even the road transport is not any safer?", "luganda": "Naye ddala ekyo kinaayamba naddala bw'olowooza ku ky'okuba nti n'entambula y'oku nguudo ekyafiiramu abantu bangi?" }, { "english": "Let’s get a little more serious.", "luganda": "Ebintu twetaaga okubiggyamu omuzannyo." }, { "english": "This means the boat was in a dangerous mechanical condition.", "luganda": "Ekyo kiraga nti eryato lyali mu mbeera mbi." }, { "english": "There should be contingency measures to stop this natural hazard.", "luganda": "Walina okubaawo ekikolebwa okwewala embeera eyo essa obulamu bw'abantu mu bulabe." }, { "english": "Nobody including knows how many passengers died or were in the boat.", "luganda": "Tewali n'omu amanyi basaabaze bameka abaafudde oba bantu bameka abaabadde mu lyato." }, { "english": "This puts his capability and business acumen to the strict test.", "luganda": "Kino kitadde obusobozi bwe obw'okusoma embeera ya bizineesi n'okuginogera eddala mu kugezesebwa okw'amaanyi." }, { "english": "Now his toughest challenge is to live up to the task.", "luganda": "Kati okusoomooza okusinga obunene kw'alina kwe kwanganga embeera eyo." }, { "english": "Getting there may be easy but staying is very difficult.", "luganda": "Okutuukayo kyangu naye kizibu nnyo okusigalayo." }, { "english": "The operation included police and court bailiffs.", "luganda": "Ekikwekweto kyalimu aba poliisi ne bawannyondo ba kooti." }, { "english": "The impounded car belonged to the wife of a city businessman.", "luganda": "Emmotoka gye baawoba yali ya mukyala wa munnabizineesi omu ow'omu kibuga." }, { "english": "Kampala City Council vends plots for shillings one hundred thousand.", "luganda": "Ekitongole kya KCC kitunda poloti ku mitwalo kkumi." }, { "english": "He presented a list of only forty-nine properties.", "luganda": "Yaleeta olukalala lwa bizimbe ana mu mwenda byokka." }, { "english": "This is not the first International move over ill-gotten money", "luganda": "Guno si gwe mulundi ogusoose amawanga ag'ebweru okuyingira mu nsonga ya ssente ezifunidde mu ngeri enkyamu" }, { "english": "Most of this money is stolen by public officials.", "luganda": "Ezisinga obungi ku ssente zino zibbibwa ku bakungu ba gavumenti." }, { "english": "The public sector should understand the challenges holding companies back.", "luganda": "Ebitongole bya gavumenti bisaanidde okumanya okusoomooza kampuni kwe zisanga." }, { "english": "Many challenges have come up under the Customs Union.", "luganda": "Okusoomooza okusinga obungi kwajjawo oluvannyuma lw'okuteekawo omukago ogugatta awamu amawanga mu nsonga za bizineesi." }, { "english": "The private sector wants to understand the implications of such challenges.", "luganda": "Ebitongole eby'obwa nnannyini nabyo byagala okutegeera engeri gye bikwatibwako okusoomooza okwo." }, { "english": "The new market has been launched last year.", "luganda": "Akatale akapya kaatandikibwawo omwaka oguwedde." }, { "english": "Businesses at the borders are very frustrated.", "luganda": "Buzineesi ezikolerwa ku nsalo zikoseddwa nnyo." }, { "english": "The market has to be expanded.", "luganda": "Akatale keetaaga okugaziyizibwa." }, { "english": "What is your style for successful management?", "luganda": "Nkola ki gy'okozesa okuddukanya obulungi ebintu?" }, { "english": "Their approach to advocacy and doing business is quite interesting.", "luganda": "Engeri gye bakwatamu ensonga abantu ze basemba n'engeri gye bakolamu bizineesi yeewuunyisa." }, { "english": "When do you start your day?", "luganda": "Olunaku lwo olutandika ddi?" }, { "english": "The bank recorded a forty-five percent increase in interest income got from loans.", "luganda": "Amagoba bbanka g'efuna ku ssente z'ewola abantu geeyongera ebitundu ana mu bitaano ku buli kikumi." }, { "english": "The bank’s operating income the amount of profit from operations grew by forty percent.", "luganda": "Amagoba bbanka g'ekola geeyongera ebitundu ana ku buli kikumi." }, { "english": "Without the additional week turnover would be eleven point one percent higher than last year.", "luganda": "Ng'oggyeeko wiiki eyeeyongeramu ssente ze yafuna zaasingako ebitundu kumi na kimu n'akatundutundu kamu ku z'omwaka oguwedde." }, { "english": "Growth on a like-for-like comparison was four point eight percent.", "luganda": "Waaliwo enkulaakulana ya bitundu bina n'obutundutundu munaana ku buli kikumi okusinga ku mwaka oguwedde." }, { "english": "The deal was not successful.", "luganda": "Ddiiru teyayitamu." }, { "english": "There were very many people involved in the deal.", "luganda": "Ddiiru yalimu abantu bangi." }, { "english": "It is difficult to meet all your goals in a year.", "luganda": "Si kyangu kutuuka ku biruubirirwa byo byonna mu mwaka gumu." }, { "english": "How to negotiate anything with anyone anywhere around the world", "luganda": "Engeri gy'oyinza okuteeseganya n'omuntu yenna ku kintu k'abe ng'abeera mu kitundu ki eky'ensi." }, { "english": "This guide provides readers with the information to negotiate with skill and ease.", "luganda": "Ekitabo kino kiwa abantu amagezi ku ngeri ennyangu era ey'ekikugu gye bayinza okuteeseganya n'abalala." }, { "english": "Organized by region the book delivers detailed business profiles of each country.", "luganda": "Ekitabo ekyo ekisengekeddwa okusinziira ku bitundu kiwa kalonda akwata ku bizineesi mu buli ggwanga." }, { "english": "It offers valuable insight into the fine points of negotiating.", "luganda": "Kiwa amagezi amalungi ku ngeri y'okuteeseganyaamu." }, { "english": "Conducting business in a foreign environment is always challenging.", "luganda": "Okukolera bizineesi mu nsi endala tekitera kuba kyangu." }, { "english": "His insights will prove invaluable in any setting.", "luganda": "Amagezi g'awa gayamba nnyo mu mbeera yonna." }, { "english": "Negotiation is a key skill that we need to have.", "luganda": "Ffenna twetaaga okuba n'obusobozi bw'okuteeseganya." }, { "english": "Children need to be guided as they join a new school.", "luganda": "Abaana beetaaga okuweebwa obulagirizi nga beegatta ku ssomero eppya." }, { "english": "It is important to know the ability of a child.", "luganda": "Kikulu okumanya obusobozi omwana bw'alina." }, { "english": "Highway truck drivers have a lot of experience.", "luganda": "Abagoba ba biroole abavugira ku nguudo ennene balina obumanyirivu bungi." }, { "english": "When wheels are misaligned it causes the tyres to wear out quickly.", "luganda": "Emipiira bwe gitatereera bulungi mu layini gigwerera mangu." }, { "english": "This leads to unnecessary expenses on tyre replacement.", "luganda": "Ekyo kireetawo ensaasaanya eteetaagisa mu kugula emipiira emipya." }, { "english": "Misaligned wheels cause problems with the stability of the automobile.", "luganda": "Emipiira egitateredde bulungi giremesa emmotoka okuggumira obulungi wansi." }, { "english": "It also causes problems with steering and maneuvering.", "luganda": "Era kikifuula kizibu okuweta emmotoka." }, { "english": "All these issues make wheel alignment important.", "luganda": "Ebyo byonna biraga nti kikulu okutereeza obulungi emipiira." }, { "english": "Tyres that need replacing can cause safety issues for cars.", "luganda": "Emipiira egyetaaga okukyusa giba gya bulabe okugikuumira ku mmotoka." }, { "english": "Even wheels that do not require replacing can still cause issues.", "luganda": "N'emipiira egiteetaaga kukyusa nagyo gisobola okuba egy'obulabe." }, { "english": "Drivers must take measures to maintain their wheels and tyres.", "luganda": "Abagoba b'ebidduka basaanidde okukakasa nti emipiira gyabwe giri mu mbeera nnungi." }, { "english": "Many people confuse wheel alignment with wheel balancing.", "luganda": "Abantu abamu batabula wheel alignment ne wheel balancing." }, { "english": "Wheel alignment involves making sure the angles of the wheels are adjusted.", "luganda": "Wheel alignment ezingiramu okulaba nti ango z'emipiira ziteredde bulungi." }, { "english": "Both balancing and alignment should be done regularly.", "luganda": "Wheel alignment ne wheel balancing byombi byetaaga okukolebwa buli luvannyuma lw'ekiseera." }, { "english": "Alignment includes all the vehicle’s components that make the car go straight.", "luganda": "Wheel alignment ezingiramu ebintu byonna ebisobozesa emmotoka okugenda obutereevu." }, { "english": "If one of the components requires repair the vehicle is unsafe to drive.", "luganda": "Singa ekimu ku bintu ebyo kiba kyetaagisa okudaabirizibwa kiba kya bulabe okuvuga emmotoka eyo." }, { "english": "Proper wheel alignment should be done every year.", "luganda": "Okutereeza obulungi emipiira gy'emmotoka kyetaaga okukolebwa buli mwaka." }, { "english": "These measurements are called caster camber and toe.", "luganda": "Ebipimo ebyo biyitibwa caster camber ne toe." }, { "english": "Africans always win in car rallies.", "luganda": "Abantu b'oku lukalu lwa Afirika batera okuwangula mu mpaka z'emmotoka." }, { "english": "Identities can be made and remade depending on circumstance and opportunity.", "luganda": "Ekyo omuntu ky'ali kisobola okukyuka okusinziira ku mbeera n'emikisa egibaawo." }, { "english": "The point here is that one’s origin is not permanently established.", "luganda": "Ensonga eri nti ekyo omuntu ky'ali tekiba kya lubeerera." }, { "english": "Academic institutions are expected to adhere to the new rule.", "luganda": "Amasomero gasaanidde okukolera ku mateeka amapya." }, { "english": "The maid demanded two hundred million shillings ransom.", "luganda": "Omukozi w'awaka yasaba aweebwe omutango gwa bukadde bibiri." }, { "english": "The parents had to pay two million shillings ransom to get their child.", "luganda": "Abazadde baalina okuwaayo omutango gwa bukadde bibiri okusobola okufuna omwana waabwe." }, { "english": "Child kidnapping has become common in Uganda.", "luganda": "Okuwamba abaana mu Uganda kuyitiridde." }, { "english": "The district funds have been secured.", "luganda": "Ssente za disitulikiti zaafunibwa." }, { "english": "Problems began when it came to swearing in a government of national unity.", "luganda": "Obuzibu bwajjawo bwe baatuuka okulayiza abo abakola gavumenti y'omukago gw'ebibiina." }, { "english": "All positions of the cabinet were readvertised.", "luganda": "Ebifo byonna ebya kabineeti byaddamu okulangibwa." }, { "english": "There is a lot that needs to be done to ensure that we get good roads.", "luganda": "Waliwo bingi ebikyetaaga okukolebwa okukakasa nti tufuna enguudo ennungi." }, { "english": "It was clear that many factors altered the political balance.", "luganda": "Kyeyoleka lwatu nti waaliwo bingi ebyaleetawo enkyukakyuka mu maanyi ga bannabyabufuzi abatali bamu." }, { "english": "The background shows it was a product of the failure of such politics.", "luganda": "Ebyafaayo biraga nti kyava ku byabufuzi ng'ebyo okulemererwa." }, { "english": "Very few human beings would seek to kill people they hate.", "luganda": "Abantu batono nnyo abayinza okwagala okutta abo be bataagala." }, { "english": "An explanation that seems powerful is FEAR.", "luganda": "Emu ku nsonga erabika ng'ey'amaanyi eyinza okuweebwa kwe KUTYA." }, { "english": "So many Hutu participated in the genocide to save their own lives.", "luganda": "Abahutu bangi beenyigira mu kittabantu lwa kwagala kutaasa bulamu bwabwe." }, { "english": "The divorce was mutual and both parties had issued a joint statement.", "luganda": "Okutuuka okugattululwa bombi baasooka kukkaanya era bombi baali bamaze okukola sitetimenti." }, { "english": "She had at least profited one hundred million dollars in assets.", "luganda": "Ekirungi omukyala yafuna omugabo ku bintu gwa ddoola obukadde kikumi." }, { "english": "They got rid of each other the issue is custody of their children.", "luganda": "Baatangana naye obuzibu bwali bw'ani asigaza abaana baabwe." }, { "english": "If a dog jumps in your lap it is because he is fond of you.", "luganda": "Embwa bw'ekubuukira ku bisambi kiba kiraga nti ekwagala." }, { "english": "If a cat jumps on your lap it is because your lap is warmer.", "luganda": "Kapa bw'ekubuukira ku bisambi kiba kiraga nti ebisambi byo bibuguma." }, { "english": "The obedient must be slaves.", "luganda": "Abagonvu balina kuba baddu." }, { "english": "If you love someone love them with all your soul.", "luganda": "Bw'oba oyagala omuntu mwagale n'obulamu bwo bwonna." }, { "english": "When you go to work work to your best capability.", "luganda": "Bw'ogenda okukola kola n'amaanyi go gonna." }, { "english": "When you hate someone hate them until it hurts.", "luganda": "Bw'okyawa omuntu mukyayire ddala." }, { "english": "There were two distinct versions of soccer.", "luganda": "Waaliwo ebika by'omuzannyo gw'omupiira bibiri." }, { "english": "The earliest known version of football was called Zumba.", "luganda": "Ekika ky'omuzannyo gw'omupiira ekyasooka kyali kiyitibwa Zumba." }, { "english": "There are many things that we need to know before we get married.", "luganda": "Waliwo ebintu bingi bye twetaaga okumanya nga tetunnayingira bufumbo." }, { "english": "This was used more as entertainment for people to watch.", "luganda": "Okusingira ddala ekyo baakikozesanga kusanyusa bantu." }, { "english": "Suspects appearing in court must undergo medical tests to assess their mental state.", "luganda": "Abantu abateeberezebwa okuzza emisango balina okukeberebwa emitwe okukakasa obanga gikola bulungi." }, { "english": "Six hundred million shillings will be allocated to payments.", "luganda": "Obukadde lukaaga bujja kussibwawo bukozesebwe mu kusasula." }, { "english": "Three million shillings will be allocated for those who were injured.", "luganda": "Obukadde busatu bujja kukozesebwa ku abo abaafuna ebisago." }, { "english": "Some patients reached the point of frustration that they left.", "luganda": "Abalwadde abamu beetamwa ne bagenda." }, { "english": "When they complained they were told to ask the government to recruit more staff.", "luganda": "Bwe beemulugunya baabagamba basabe gavumenti eyongere ku muwendo gw'abakozi." }, { "english": "Some colleagues received salary cuts.", "luganda": "Abamu ku bo omusaala gwabwe gwasalibwako." }, { "english": "There is evidence that registers have been tampered with.", "luganda": "Waliwo obukakafu obulaga nti enkalala zaakwatibwamu." }, { "english": "What behavior would be expected of such troops?", "luganda": "Kiki ekiba kisuubirwa mu magye ng'ago." }, { "english": "Only parts of the law that promote cheating are implemented.", "luganda": "Ebitundu by'amateeka ebibasobozesa okubba byokka bye bakolerako." }, { "english": "These requests are meant to promote free and fair elections", "luganda": "Okusaba kuno kugendereddwa kusobozesa kulonda kuba kwa mazima na bwenkanya" }, { "english": "Most of these instances were provocation with patience", "luganda": "Nyingi ku mbeera ezo zaava ku kusosonkereza wakati waabwe n'abalwadde" }, { "english": "Patience is what people need.", "luganda": "Abantu beetaaga okuba abagumiikiriza." }, { "english": "Organizing free and fair elections can ensure peace and stability.", "luganda": "Okutegeka okulonda okw'amazima n'obwenkanya kikuuma emirembe n'obutebenkevu." }, { "english": "How history can repeat itself.", "luganda": "Ebyafaayo biddingana." }, { "english": "There should be a way to contain the violence.", "luganda": "Wateekwa okubaawo engeri y'okwangangamu ebikolwa eby'obukambwe." }, { "english": "I have been to this office many times last week.", "luganda": "Nnajja mu ofiisi eno emirundi mingi wiiki ewedde." }, { "english": "Dependents are in school two being at the University.", "luganda": "Abakyetaaga okulabirirwa bakyasoma era babiri bali ku yunivasite" }, { "english": "Perhaps one explanation for the delays is mismanagement.", "luganda": "Oboolyawo ensonga emu eviiriddeko ebintu okukandaalirira kwe kuba nti ebintu tebikwatiddwa bulungi." }, { "english": "Egesa has exposed the people behind the fraud.", "luganda": "Egesa ayanise abantu abali emabega w'obubbi obwo." }, { "english": "The current lockdown situation has been very difficult.", "luganda": "Embeera y'omuggalo oguliwo kati si nnyangu n'akamu." }, { "english": "We are not allowed to move from one district to another.", "luganda": "Tetukkirizibwa kuva mu disitulikiti emu kugenda mu ndala." }, { "english": "Boda Boda riders are not allowed to carry any passengers.", "luganda": "Abavuzi ba boodabooda tebakkirizibwa kutikka basaabaze." }, { "english": "The health workers have to walk to hospitals during this period.", "luganda": "Mu kiseera kino abasawo balina kutambuza bigere okugenda ku malwaliro okukola." }, { "english": "It is not easy for pregnant women to walk to hospitals.", "luganda": "Si kyangu abakazi abali embuto okutambula okugenda mu ddwaliro." }, { "english": "Even in lockdown we need to still take our children for immunization.", "luganda": "Ne mu kiseera ky'omuggalo tukyetaaga okutwala abaana baffe okugemebwa." }, { "english": "The vaccines for immunization will be available next week.", "luganda": "Eddagala ly'okugemesa lijja kubaawo wiiki ejja." }, { "english": "The vaccines will be given to only elderly people.", "luganda": "Eddagala lijja kuweebwa bakadde bokka." }, { "english": "The health workers and teachers will get the vaccines first.", "luganda": "Abasawo n'abasomesa be bajja okusooka okugemebwa." }, { "english": "It is good to be at the health center early in the morning to get the vaccine.", "luganda": "Kirungi okukeera ku ddwaliro osobole okugemebwa." }, { "english": "The vaccine will not be given to children.", "luganda": "Abaana abato tebajja kugemebwa." }, { "english": "The two raids are not isolated incidents.", "luganda": "Obulumbaganyi obwo obw'emirundi ebiri bwali butegeke." }, { "english": "The two governments have repeatedly used force to take back refugees.", "luganda": "Gavumenti ezo ebbiri zizze zikozesa eryanyi okuzzaayo abanoonyi b'obubudamu mu nsi yaabwe." }, { "english": "The youth are allowed to get vaccines.", "luganda": "Abavubuka basobola okugemebwa." }, { "english": "Hospitals have run out of medicines.", "luganda": "Amalwaliro tegakyalina ddagala." }, { "english": "When they spoke it was slow and confusing.", "luganda": "Bye baayogera baabyogera mpola ate nga bibuzaabuza." }, { "english": "He needs to find someone to blame.", "luganda": "Yeetaaga okufunayo ow'okunenya." }, { "english": "The ministry should provide sufficient drugs for the health centers.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulamu kirina okuwa amalwaliro eddagala erimala." }, { "english": "The health centers should report in time when the medicine has run out.", "luganda": "Amalwaliro galina okutegeeza ekitongole nga bukyali ng'eddagala ligaweddeko." }, { "english": "The government drivers have been told to pack the cars at the ministry.", "luganda": "Abavuzi b'emmotoka za gavumenti bagambiddwa okusimba emmotoka ku bizimbe by'ekitongole." }, { "english": "This bill has been fought for years", "luganda": "Etteeka eryo liwakanyiziddwa okumala emyaka mingi" }, { "english": "The cars have to be serviced before they go out to the field.", "luganda": "Emmotoka zirina okukolebwa saaviisi nga tezinnatwalibwa kukozesebwa mu mirimu." }, { "english": "People were discussing the World Cup final.", "luganda": "Abantu abaali boogera ku mpaka z'ekikopo ky'ensi yonna ez'akamalirizo." }, { "english": "Many road accidents happen at night.", "luganda": "Obubenje bw'oku nguudo obusinga bubaawo kiro." }, { "english": "Four people were injured in the accident.", "luganda": "Abantu bana be baakosebwa mu kabenje." }, { "english": "The truck was delayed because of a road accident.", "luganda": "Loole yakeerewa olw'akabenje akaali kaguddewo." }, { "english": "As he was making dinner his can opener stopped working.", "luganda": "Bwe yali afumba ekyeggulo ekisaanukula omukebe kyalekera awo okukola." }, { "english": "The truck with the matooke has just arrived.", "luganda": "Loole y'amatooke yaakatuuka." }, { "english": "We have to wait for the truck to arrive with the firewood.", "luganda": "Tulina okulinda loole y'enku etuuke." }, { "english": "People react to events in different ways.", "luganda": "Abantu beeyisa mu ngeri ya njawulo nga waliwo ekiguddewo." }, { "english": "There is always a need to ensure we have packed enough food.", "luganda": "Buli kaseera tulina okukakasa nti twetisse emmere emala." }, { "english": "Food is very expensive these days.", "luganda": "Ennaku zino emmere ya buseere." }, { "english": "The children have to wake up very early.", "luganda": "Abaana balina okuzuukuka ku makya ennyo." }, { "english": "They walk for long distances to go to school.", "luganda": "Batambula engendo mpanvu okugenda ku ssomero." }, { "english": "After the meeting they were advised to write down their views.", "luganda": "Oluvannyuma lw'olukungaana baasabibwa okuwandiika ebirowoozo byabwe." }, { "english": "The proposal reviews have been released.", "luganda": "Ebirowoozo by'abantu bifulumiziddwa." }, { "english": "We need to address all the mayor's comments.", "luganda": "Tulina okwogera ku ebyo byonna meeya bye yagambye." }, { "english": "There should always be support for players.", "luganda": "Buli kiseera abazannyi baba beetaaga okuwagirwa." }, { "english": "Support should be given to the torture victims.", "luganda": "Abo abaatulugunyizibwa beetaaga okuweebwa obuyambi." }, { "english": "Most reporters are vulnerable recruits who can be taken into terrorist activities.", "luganda": "Bangi ku abo abaava mu buyeekera kyangu okusendebwasendebwa okuyingira mu butujju." }, { "english": "They claim they are still resourceful despite mishandling their issues.", "luganda": "Bagamba nti bakyali ba mugaso wadde nga tebaakwata bulungi nsonga zaabwe." }, { "english": "This sum of money had been stolen from the national cash box.", "luganda": "Ssente ezo zaali zabbibwa okuva mu nsawo y'eggwanga." }, { "english": "Some children can’t afford their school fees.", "luganda": "Abaana abamu tebasobola kusasula bisale bya ssomero." }, { "english": "According to police cases of child kidnap are on the rise.", "luganda": "Okusinziira ku poliisi emisango gy'okuwamba abaana gyeyongera buli lukya." }, { "english": "Girls should avoid moving out of home at night.", "luganda": "Abawala basaanidde okwewala okutambula ekiro." }, { "english": "Girls in Kamuli district are very vulnerable.", "luganda": "Abawala b'omu disitulikiti y'e Kamuli bali mu bulabe bwa maanyi." }, { "english": "There is always a need to ensure that girls are protected.", "luganda": "Kyetaagisa buli kiseera okukakasa nti abawala bakuumibwa." }, { "english": "Fathers should always be present in their daughters' lives.", "luganda": "Bataata buli kiseera basaanidde okubeererawo bawala baabwe." }, { "english": "Children should be supported as they go through school.", "luganda": "Abaana basaanidde okuyambibwa nga basoma." }, { "english": "It is a joy to see girls graduating.", "luganda": "Kisanyusa okulaba abawala nga batikkirwa." }, { "english": "That girl has graduated with very good scores.", "luganda": "Omuwala oyo atikiddwa era ayise bulungi." }, { "english": "Phones should not be given to children.", "luganda": "Abaana tebalina kuweebwa masimu." }, { "english": "There is a hindrance with the payments.", "luganda": "Wakyaliwo ebikyalemesezza okusasula." }, { "english": "Keeping deadlines is always a very good habit.", "luganda": "Bulijjo kirungi okumaliriza emirimu mu budde." }, { "english": "There should be a way to check if the deadlines have been met.", "luganda": "Walina okubaawo engeri y'okukakasaamu obanga emirimu gimaliriziddwa mu budde." }, { "english": "There should not be any delays in delivering the work.", "luganda": "Abantu tebalina kukeerewa kuwaayo mirimu gyabwe." }, { "english": "This was a bad move to go home.", "luganda": "Okusalawo okudda eka tekyali kya magezi." }, { "english": "Passengers were stuck on the airline due to the delay.", "luganda": "Abasaabaze baakonkomalira ku kisaawe olw'okuba ennyonyi yali ekeereye." }, { "english": "The airline was delayed in Tanzania.", "luganda": "Ennyonyi yalwa e Tanzania." }, { "english": "Ugandans should not make jokes about the airline.", "luganda": "Bannayuganda tebasaanidde kujerega kitongole kya nnyonyi eyo." }, { "english": "These are the recipients of COVID-19 money.", "luganda": "Bano be baafuna ssente za kkovidi kkumi na mwenda." }, { "english": "Are the attacks religious-based or not?", "luganda": "Obulumbaganyi obwo bwakolebwa mu linnya lya ddiini oba nedda?" }, { "english": "The pictures of those people who received the Covid-19 fund need to be released.", "luganda": "Ebifaananyi by'abo abaafuna ssente za covid 19 bisaanidde okufulumizibwa." }, { "english": "We should patiently wait for the relief food.", "luganda": "Tusaanidde okulindirira n'obugumiikiriza emmere egenda okutuweebwa okutudduukirira." }, { "english": "The government has promised to send us relief food.", "luganda": "Gavumenti esuubizza okutuwa emmere." }, { "english": "The government hospitals do not need donor money to work.", "luganda": "Amalwaliro ga gavumenti tegeetaaga kusooka kuweebwa buyambi bwa ssente okusobola okukola." }, { "english": "Government workers always report late to work.", "luganda": "Buli kiseera abakozi ba gavumenti batuuka kikeerezi ku mirimu." }, { "english": "Pharmacies should always stock up on medicines.", "luganda": "Amaduuka agatunda eddagala bulijjo gasaanidde okukakasa nti gaba n'eddagala erimala." }, { "english": "The medicines have been destroyed by fire.", "luganda": "Omuliro gwasaanyaawo eddagala." }, { "english": "The main building in Makerere University was destroyed by fire.", "luganda": "Omuliro gwayokya ekizimbe kya yunivasite y'e Makerere ekikulu." }, { "english": "This is how cakes are made.", "luganda": "Eno ye ngeri y'okukolamu keeki." }, { "english": "They began fighting and were unable to get anything done.", "luganda": "Baatandika okulwanagana era tebaasobola kubaako kye bakola." }, { "english": "The organized group captured power yesterday.", "luganda": "Ekibinja ekitegeke kyatutte obuyinja jjo." }, { "english": "The judge told me to go home.", "luganda": "Omulamuzi yangamba nzireyo eka." }, { "english": "After a lot of delays he agreed that they look into the issue.", "luganda": "Oluvannyuma lw'okulwawo ennyo yakkiriza batunule mu nsonga." }, { "english": "People should be aware that Covid nineteen is very dangerous.", "luganda": "Abantu basaanidde okukimanya nti obulwadde bwa kkovidi kkumi na mwenda bwa mutawaana nnyo." }, { "english": "Those on district council positions would pay two hundred thousand shillings.", "luganda": "Abo abali ku bukiiko bwa disitulikiti bajja kusasula emitwalo abiri." }, { "english": "Street parking generates a lot of revenue for the town.", "luganda": "Omusolo gwa paakingi ekibuga kigufunamu ssente nnyingi." }, { "english": "They should reconcile the fights in their parties.", "luganda": "Balina okumalawo okulwanagana mu bibiina byabwe." }, { "english": "There were attempts of reconciliation between the two families.", "luganda": "Waliwo ebyakolebwa okugezaako okuzzaawo emirembe wakati w'ab'omu maka ago abiri." }, { "english": "He was not aware the party was holding primaries to choose flag bearers.", "luganda": "Yali takimanyi nti ekibiina kyali kitegese okulonda okw'okusunsulamu okusobola okulonda abo abanaakikwatira bbendera." }, { "english": "Nambooze accused the media of bringing friction in the Democratic Party.", "luganda": "Nambooze yanenya emikutu gy'empuliziganya nti gye gyali gireeseewo obukuubagano mu DP." }, { "english": "Political parties should have clear governance structures.", "luganda": "Ebibiina by'obufuzi birina okuba n'enteekateeka ey'obukulembeze ennambulukufu obulungi ." }, { "english": "The rest of the candidates were told to register the next day.", "luganda": "Abaali beesimbyewo abalala baabagamba okwewandiisa olunaku oluddako." }, { "english": "We should build a culture of changing leaders.", "luganda": "Tusaanidde okuba n'empisa ey'okukyusa abakulembeze." }, { "english": "Street vendors should be relocated to a market.", "luganda": "Abatembeeyi b'oku makubo basaanidde okusengulwa badde mu butale." }, { "english": "Cleanliness in a market is very important.", "luganda": "Kikulu okukuuma obuyonjo mu katale." }, { "english": "Nobody should threaten you with a panga.", "luganda": "Tewali muntu akkirizibwa kukutiisatiisa na jjambiya." }, { "english": "Children should always shower early in the morning.", "luganda": "Abaana basaanidde okunaabanga ku makya ennyo." }, { "english": "We have the ability to govern this country.", "luganda": "Tulina obusobozi obw'okuddukanya eggwanga lino." }, { "english": "Nobody has a right to annoy people.", "luganda": "Tewali muntu alina buyinza kunyiiza bantu." }, { "english": "We will imprison him if he does not change his behavior.", "luganda": "Tujja kumusiba singa takyusa nneeyisa ye." }, { "english": "Our mission is to build church-founded schools.", "luganda": "Omulamwa gwaffe gwa kuzimba masomero gali ku musingi gwa ddiini." }, { "english": "Gayaza high school is the oldest girls school in Uganda", "luganda": "Essomero lya Gayaza High School lye ssomero ly'abawala erisingayo obukadde mu Uganda" }, { "english": "Presidential election results should always be announced on the radio.", "luganda": "Ebiba bivudde mu kulonda kwa pulezidenti birina okulangirirwa ku leediyo." }, { "english": "Election results will be announced tomorrow.", "luganda": "Ebivudde mu kulonda bijja kulangirirwa enkya." }, { "english": "The opposition has a lot of support in northern Uganda.", "luganda": "Ab'oludda oluvuganya gavumenti balina obuwagizi bungi mu bitundu by'omu bukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "The election results were released very late.", "luganda": "Ebyavudde mu kulonda byaluddewo nnyo okulangirirwa." }, { "english": "Election results should always be transparent.", "luganda": "Ebiba bivudde mu kulonda birina okuba nga byerufu." }, { "english": "Police should always try to be tolerant of the citizens.", "luganda": "Bulijjo poliisi esaanidde okukwata obulungi abantu." }, { "english": "Police have been the greatest tormentor of the opposition.", "luganda": "Abapoliisi be basinze okutigomya ab'oludda oluvuganya gavumenti." }, { "english": "The police have hit the opposition and their supporters.", "luganda": "Abapoliisi bakubye ab'oludda oluvuganya n'abawagizi baabwe." }, { "english": "Police should not be involved in elections.", "luganda": "Poliisi terina kwenyigira mu kulonda." }, { "english": "Arua city hosts many non-government projects.", "luganda": "Ekibuga kya Arua kirimu projekiti nnyingi ez'ebibiina bya bannakyewa." }, { "english": "There is a lot of development in Arua city.", "luganda": "Ekibuga kya Arua kikulaakulanye nnyo." }, { "english": "The opposition will take the call for free and fair elections to all corners of the country.", "luganda": "Ab'oludda oluvuganya bajja kutuusa omulanga ogw'okulonda okw'amazima n'obwenkanya mu bitundu by'eggwanga byonna." }, { "english": "The call has gained more supporters with other pressure groups.", "luganda": "Omulanga ogwo gweyongedde okufuna obuwagizi okuva mu bantu ne mu bibiina ebirala." }, { "english": "Violence is always discouraged during elections.", "luganda": "Bulijjo ebikolwa eby'obukambwe bivumirirwa mu kiseera ky'okulonda." }, { "english": "He says the payment is in the final stages.", "luganda": "Agamba nti ensasula eri ku mutendera ogusembayo." }, { "english": "Payment for KCCA workers should be enforced.", "luganda": "Abakozi ba KCCA balina okusasulwa." }, { "english": "Government policies should always be introduced at the district level.", "luganda": "Enkola za gavumenti bulijjo zisaanidde okutandikira ku disitulikiti." }, { "english": "Bombings killed over seventy-six people yesterday.", "luganda": "Bbomu ezaabwatuse jjo zasse abantu abasukka mu nsanvu mu omukaaga." }, { "english": "Churches and supermarkets will have to follow the new law.", "luganda": "Amakanisa ne zissemaduuka zirina okugoberera amateeka amapya." }, { "english": "Public transport is expected to adhere to the new policy.", "luganda": "Entambula eya lukale esaanidde okugoberera amateeka amapya." }, { "english": "He now faces charges of beating the police.", "luganda": "Kati avunaanibwa gwa kukuba bapoliisi." }, { "english": "One person was injured in the shooting.", "luganda": "Omuntu omu ye yakoseddwa amasasi." }, { "english": "He was punished for failing to put their summons in writing.", "luganda": "Yabonerezebwa olw'okulemererwa okuwandiika bye baayogera." }, { "english": "The total budget expenditure will be at least ten percent lower than intended.", "luganda": "Ssente ezinaasaasaanyizibwa zijja kuba wansiko waakiri ebitundu kkumi ku buli kikumi ku zaali zisuubirwa." }, { "english": "This was due to weak progress in many sectors due to corruption.", "luganda": "Kino kyava ku nkulaakulana entono eyaliwo mu bitongole bingi olw'obulyi bw'enguzi." }, { "english": "Although there was progress in the health and education performance was weak.", "luganda": "Wadde nga waaliwo enkulaakulana mu by'obulamu ne mu by'enjigiriza nabyo tebyakola bulungi." }, { "english": "There will always be delays in obtaining the test results.", "luganda": "Ebiva mu kukeberebwa bijjanga kulwangawo okufulumizibwa." }, { "english": "It is important to discipline students at home.", "luganda": "Kikulu okukangavulira abaana awaka." }, { "english": "There were disappointing results in the transport sector.", "luganda": "Waliwo ebitaatambula bulungi mu by'entambula." }, { "english": "The government should recover the misappropriated funds.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okuzuula ssente ezaabulankanyizibwa." }, { "english": "He has resisted police criminal summons several times.", "luganda": "Enfunda nnyingi aziyizza okunoonyereza kwa poliisi ku buzzi bw'emisango." }, { "english": "Children love to have cakes on their birthdays.", "luganda": "Abaana baagala nnyo okulya keeki ku mazaalibwa gaabwe." }, { "english": "There must be a good reason for him to appear at the police.", "luganda": "Wateekwa okuba nga waliwo ensonga ey'amaanyi emuleetera okugenda ku poliisi." }, { "english": "Schools have been closed for over a year now.", "luganda": "Kati amasomero gamaze omwaka ogusukka mu gumu nga maggale." }, { "english": "Hospitals are overwhelmed by the number of admitted patients.", "luganda": "Amalwaliro abalwadde bagasukkiriddeko obungi." }, { "english": "All the information is available at the office of the mayor.", "luganda": "Byonna ebikwata ku nsonga eyo bisobola okufunibwa ku ofiisi ya meeya." }, { "english": "People should share knowledge in their language groups.", "luganda": "Abantu basaanidde okugabana okumanya n'abantu aboogera olulimi lwabwe." }, { "english": "In the end what matters is to complete the project successfully.", "luganda": "Ku nkomerero ekikulu kwe kumaliriza omulimu obulungi." }, { "english": "There are a lot of places to visit in Uganda.", "luganda": "Waliwo ebifo bingi eby'okulambula mu Uganda." }, { "english": "Tourists always come to visit Uganda.", "luganda": "Bulijjo abalambuzi bajja okulambula Uganda." }, { "english": "I have traveled across the country.", "luganda": "Ntuuse mu bitundu by'eggwanga bingi." }, { "english": "Journalists should be allowed to speak their minds.", "luganda": "Bannamawulire basaanidde okuweebwa eddembe okuwa endowooza yaabwe." }, { "english": "My view is that the answer should always be open.", "luganda": "Nze ndowooza nti eky'okuddamu tetusaanidde kukikalambirako." }, { "english": "The general elections were peaceful.", "luganda": "Okulonda okw'awamu kwali kwa mirembe." }, { "english": "People were walking ten kilometers to rally sites.", "luganda": "Abantu baatambulanga kiromita kkumi okugenda we bakubira kampeyini." }, { "english": "Groups of people would be hosted on a large ground.", "luganda": "Abantu bangi baakungaaniranga mu bisaawe ebigazi." }, { "english": "The pathways were created to allow movement through the crowd.", "luganda": "Baateekawo amakubo okusobozesa abantu okutambula okuyita mu kibinja ky'abantu." }, { "english": "There are huge drinking water tanks on all corners.", "luganda": "Ku buli nsonda waliwo ttanka ennene ez'amazzi g'okunywa." }, { "english": "The first aid tent should be enlarged.", "luganda": "Walina okubaawo weema awafunirwa obujjanjabi obusookerwako ne ambyulensi okutambuza abalwadde." }, { "english": "Youth volunteers look through the crowd to spot the elderly.", "luganda": "Abavubuka abakola nga bannakyewa batunula mu bantu okunoonyaamu abakaddiye." }, { "english": "Even excited people should not break police barriers.", "luganda": "Abantu ne bwe baba nga basanyuse nnyo tebasaanidde kusuuka poliisi w'ebalagidde okukoma." }, { "english": "The animals in the game park will be relocated.", "luganda": "Ensolo eziri mu kkumiro ly'ebisolo zijja kusengulwa." }, { "english": "The police has been deployed at every turn.", "luganda": "Poliisi eyiiriddwa buli wamu." }, { "english": "But it is also because people seem to respect rules.", "luganda": "Naye era kiri kityo lwa kuba abantu balabika ng'abassa ekitiibwa mu mateeka." }, { "english": "He mobilized people to kill their neighbors along ethnic lines.", "luganda": "Yakunga abantu okutta baliraanwa baabwe abatali ba ggwanga lyabwe." }, { "english": "The genocide was successful because of effective mobilization by the state.", "luganda": "Ekittabantu kyaliwo olw'okuba gavumenti yasobola bulungi okukunga abantu okukyenyigiramu." }, { "english": "It was a powerful insight but one which also goes the other way.", "luganda": "Kye yayogera kikulu naye era kikwata ne ku ludda olulala." }, { "english": "He had heard all this over the radio and looked for leaders to register him.", "luganda": "Bino byonna yabiwulirira ku leediyo era n'alindirira abakulembeze okumuwandiisa." }, { "english": "They will not attend to your problems if you go to them.", "luganda": "Tebajja kukola ku bizibu byo bw'ogenda gye bali." }, { "english": "This was through the provision of public services like healthcare and education.", "luganda": "Kino baakikola nga batuusa ku bantu empeereza gamba nga mu by'obujjanjabi ne mu by'enjigiriza." }, { "english": "He said the authorities did not help during the raid.", "luganda": "Agamba nti ab'obuyinza tebaabayamba nga balumbiddwa." }, { "english": "Discriminating against opposition supporters is not good.", "luganda": "Si kirungi kusosola abawagira oludda oluvuganya gavumenti." }, { "english": "The farmers are complaining about pests affecting their crops.", "luganda": "Abalimi beekubidde enduulu ku birya ebirime byabwe." }, { "english": "The little boys have played a lot today.", "luganda": "Abalenzi abato bazannye nnyo leero." }, { "english": "The closure of schools has affected everyone.", "luganda": "Okuggala amasomero kikosezza buli omu." }, { "english": "Leaders work together in a government of national unity.", "luganda": "Abakulembeze bakolera wamu mu gavumenti y'omukago gw'ebibiina." }, { "english": "People are not beneficiaries of government programs.", "luganda": "Abantu tebaganyulwa mu programu za gavumenti." }, { "english": "Political parties have incentives they give to voters.", "luganda": "Ebibiina by'obufuzi bibaako ebintu bye biwa abalonzi okubasendasenda okulonda." }, { "english": "We have forums where these issues are raised.", "luganda": "Tulina obukiiko obusobola okutegeezebwa ensonga ezo." }, { "english": "The other parties have presented this matter to the forum.", "luganda": "Ebibiina ebirala bitegeezezza akakiiko ensonga eyo." }, { "english": "The organization has been assessed by the auditors.", "luganda": "Ekibiina kyetegerezeddwa abakebera ebitabo." }, { "english": "I asked the President what he thought of the candidate.", "luganda": "Nnabuuza pulezidenti kye yali alowooza ku oyo eyali yeesimbyewo." }, { "english": "He said his party is strong and can win the election.", "luganda": "Yagamba nti ekibiina kye kya maanyi era kisobola okuwangula okulonda." }, { "english": "There are many kinds of COVID nineteen treatment options.", "luganda": "Waliwo obujanjabi bungi obusobola okukozesebwa okujjanjaba kkovidi kkumi na mwenda." }, { "english": "Providing a quality health system should be a priority for the government.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okukulembeza eky'okusitula omutindo gw'eby'obujjanjabi." }, { "english": "It is not good to go outside interact with the women.", "luganda": "Si kirungi kufuluma wabweru kukolagana na bakazi." }, { "english": "Public services should be accessed by everyone", "luganda": "Abantu bonna basaanidde okutuusibwako empeereza" }, { "english": "It is hard to build honest opposition politics.", "luganda": "Si kyangu kufuna ba ludda luvuganya gavumenti beesimbu." }, { "english": "He did the training with a lot of wisdom.", "luganda": "Yayoleka amagezi mangi ng'atendekebwa." }, { "english": "The village party was successful.", "luganda": "Ekibiina ky'oku kyalo kyatuuka ku buwanguzi." }, { "english": "He has a lot of people to pay today.", "luganda": "Alina abantu bangi ab'okusasula leero." }, { "english": "Kagame thanked locals for their good work.", "luganda": "Kagame yeebaza abatuuze olw'omulimu omulungi gwe baali bakoze." }, { "english": "He requested the audience to continue on the right path.", "luganda": "Yakubiriza abantu okweyongera okutambulira mu kkubo ettuufu." }, { "english": "His speeches were very brilliant.", "luganda": "Yayogera bulungi nnyo." }, { "english": "The school fees has been returned back to the parents.", "luganda": "Ssente z'essomero zikomyewo eri abazadde." }, { "english": "The government paid money to compensate the victims.", "luganda": "Gavumenti yasasula ssente okuliyirira abaakosebwa." }, { "english": "Public debates were broadcast on television.", "luganda": "Okukubaganya ebirowoozo kwalagibwa ku ttivi." }, { "english": "Unemployment is very high in Uganda.", "luganda": "Abantu bangi mu Uganda tebalina mirimu." }, { "english": "The incumbent gave inspirational messages.", "luganda": "Pulezidenti ali mu buyinza yayogera ebigambo ebiwa abantu essuubi." }, { "english": "I have great plans for my life.", "luganda": "Nnina pulaani ennungi ennyo ze nkoze ezikwata ku bulamu bwange." }, { "english": "They want him to be released from prison today.", "luganda": "Baagala ateebwe okuva mu kkomera leero." }, { "english": "All driving permits will be inspected.", "luganda": "Pamiti z'abagoba b'ebidduka zonna zijja kukeberebwa." }, { "english": "Only qualified drivers will be allowed on the road.", "luganda": "Abagoba b'ebiddukka abatuukiriza ebisaanyizo be bokka abajja okukkirizibwa ku luguudo." }, { "english": "Accidents have led to the death of many people.", "luganda": "Obubenje buviiriddeko abantu bangi okufa." }, { "english": "Both of the candidates are suitable for the post.", "luganda": "Abeesimbyewo bonna bagwana ekifo ekyo." }, { "english": "Will he make the right choice?", "luganda": "Anaasalawo bulungi?" }, { "english": "A king in Buganda is special.", "luganda": "Mu Buganda kabaka aba wa njawulo nnyo." }, { "english": "The king usually has several names.", "luganda": "Kabaka batera okumutuuma amannya mangi." }, { "english": "Some of the king's names were mentioned.", "luganda": "Agamu ku mannya ga kabaka tegaamenyeddwa." }, { "english": "There will be a meeting at the statehouse.", "luganda": "Wajja kubaawo olukungaana mu maka g'obwa pulezidenti." }, { "english": "The issues concerning the taxes will be solved.", "luganda": "Ensonga ezikwata ku misolo zijja kugonjoolwa." }, { "english": "The meeting is to be held in the afternoon.", "luganda": "Olukungaana lujja kubaawo lwaggulo." }, { "english": "Some of the ladies supported the law.", "luganda": "Abamu ku bakyala baawagidde etteeka eryo." }, { "english": "Why were the Asians sent away?", "luganda": "Lwaki Abayindi baagobwa?" }, { "english": "They have a history of poor leadership.", "luganda": "Ebyafaayo biraga nti babadde n'obukulembeze obubi." }, { "english": "People are still not happy with the new taxes.", "luganda": "Abantu tebannasanyukira misolo mipya." }, { "english": "The fuel taxes are too high.", "luganda": "Emisolo ku mafuta giri waggulu nnyo." }, { "english": "He gave a speech during the celebration.", "luganda": "Yayogera ku mukolo." }, { "english": "They want to get him out of prison.", "luganda": "Baagala okumuggya mu kkomera." }, { "english": "His arrest was unfair.", "luganda": "Tekyali kya bwenkanya kumukwata." }, { "english": "The party needs more supporters.", "luganda": "Ekibiina kyetaaga abawagizi abasingako." }, { "english": "There were fights among party members.", "luganda": "Mu kibiina mwalimu entalo." }, { "english": "The meeting was for female leaders in the party.", "luganda": "Olukungaana lwali lwa bakulembeze b'ekibiina abakyala." }, { "english": "He may lose a lot of property.", "luganda": "Ayinza okufiirwa ebintu bingi." }, { "english": "His land was stolen by the army.", "luganda": "Ettaka lye amagye gaalibba." }, { "english": "The land title was forged.", "luganda": "Ekyapa kyajingirirwa." }, { "english": "The residents attacked people who had come to chase them from the land.", "luganda": "Abatuuze baalumba abantu abaali bazze okubagoba ku ttaka." }, { "english": "They did not want people on the land.", "luganda": "Baali tebaagala bantu ku ttaka eryo." }, { "english": "The residents were ready to fight.", "luganda": "Abatuuze baali beetegefu okulwana." }, { "english": "She has spent a month without coming back home.", "luganda": "Amaze omwezi nga tadda waka." }, { "english": "The resident may have been kidnapped.", "luganda": "Omutuuze bayinza okuba nga baamuwamba." }, { "english": "His wife has not seen him for seven days now.", "luganda": "Kati mukyala we amaze ennaku musanvu nga talaba ku mwami we." }, { "english": "The two countries will work together.", "luganda": "Amawanga gano abiri gajja kukolera wamu." }, { "english": "A few sectors will benefit from the government money.", "luganda": "Ebitongole bitono bye bijja okuganyulwa mu ssente za gavumenti." }, { "english": "There is strong competition in the elections.", "luganda": "Waliwo okuvuganya kwa maanyi mu beesimbyewo." }, { "english": "The political parties are not on good terms.", "luganda": "Waliwo embiranyi wakati w'ebibiina by'obufuzi." }, { "english": "The water in the river has reduced.", "luganda": "Amazzi g'omugga gakendedde." }, { "english": "The government plans to set up a dam.", "luganda": "Gavumenti erina enteekateeka ey'okuzimba ebbibiro." }, { "english": "There has been a reduction in the employees' salary in that company.", "luganda": "Omusaala gw'abakozi ba kampuni eyo gwakendeezebwa." }, { "english": "The company must follow the new tax laws.", "luganda": "Kampuni erina okugoberera amateeka amapya agakwata ku musolo." }, { "english": "There was a riot on Jinja road.", "luganda": "Wabaddewo okwekalakaasa ku luguudo lwa Jinja." }, { "english": "There is unfair treatment of workers based on their gender.", "luganda": "Abakozi basosolwa okusinziira ku kikula kyabwe." }, { "english": "Both teams have promised to do their best.", "luganda": "Ttiimu zombi zisuubizza okukola kyonna ekisoboka." }, { "english": "The team is well prepared for the games.", "luganda": "Ttiimu yeetegekedde bulungi empaka." }, { "english": "Newly elected officials should start working right away.", "luganda": "Wajja kubaawo empaka za golf ku mukolo gw'amattikira oguddako." }, { "english": "The team will participate in the World Cup games.", "luganda": "Ttiimu ejja kwenyigira mu mpaka z'ekikopo ky'ensi yonna." }, { "english": "It will be the first time the team participates in the event.", "luganda": "Guno gwe gujja okuba omulundi ogusoose ttiimu eno okwenyigira mu mpaka ezo." }, { "english": "Indians have very many businesses in Uganda.", "luganda": "Abayindi balina bizineesi nnyingi mu Uganda." }, { "english": "The minister will arrive in July.", "luganda": "Minisita ajja kutuuka mu Jjulaayi." }, { "english": "The minister is a potential investor.", "luganda": "Minisita oyo asobola okufuuka yinvesita." }, { "english": "There is an increase in poverty in the region.", "luganda": "Obwavu bweyongedde nnyo mu kitundu." }, { "english": "The youth are encouraged to start new businesses.", "luganda": "Abavubuka bakubiriziddwa okutandikawo bizineesi empya." }, { "english": "The ruling party won most of the parliamentary seats.", "luganda": "Ekibiina ekiri mu buyinza kyawangula ebifo ebisinga obungi mu paliyamenti." }, { "english": "What could have caused their loss?", "luganda": "Kiki ekiyinza okuba nga kye kyabaviirako okuwangulwa?" }, { "english": "They organized prayers to thank God for preserving their lives.", "luganda": "Baategeka okusaba basobole okwebaza Katonda olw'okubakuuma nga balamu." }, { "english": "The incident will forever be remembered.", "luganda": "Ekyo ekyaliwo tekijja kwerabirwa." }, { "english": "The water in the area is dirty.", "luganda": "Amazzi g'omu kitundu makyafu." }, { "english": "Most people did not turn up for voting in fear of chaos.", "luganda": "Abantu abasinga obungi tebajja kulonda olw'okuba baali batya nti wajja kubaawo obuvuyo." }, { "english": "He was released on bail.", "luganda": "Baamuteera ku kakalu ka kkooti." }, { "english": "It is expected to rain tomorrow.", "luganda": "Enkuba esuubirwa okutonnya enkya." }, { "english": "The company now has a new branch.", "luganda": "Kampuni kati yaggulawo ettabi eppya." }, { "english": "They asked people to support their business.", "luganda": "Baasaba abantu okuwagira bizineesi yaabwe." }, { "english": "The organization intends to refund the money.", "luganda": "Ekibiina kiteekateeka okubaddiza ssente zaabwe." }, { "english": "There will be no refunds for the illegal transactions.", "luganda": "Abaakola ebintu mu bukyamu tebajja kuddizibwa ssente zaabwe." }, { "english": "Newly elected officials should start working right away.", "luganda": "Abakungu abaakalondebwa basaanidde okutandikirawo okukola emirimu." }, { "english": "The new leaders are ready to serve.", "luganda": "Abakulembeze abapya beetegefu okuweereza." }, { "english": "The final decision regarding age and term limits will be made this month.", "luganda": "Eky'enkomeredde ku myaka ne ku kkomo ku bisanja kijja kusalibwawo omwezi guno." }, { "english": "The residents are being forced out of their homes.", "luganda": "Abatuuze babagoba mu maka gaabwe." }, { "english": "It is not the first time people have been evicted.", "luganda": "Guno si gwe mulundi ogusoose abantu okugobwa ku ttaka." }, { "english": "The church will not elect a new leader.", "luganda": "Ekkanisa tejja kulonda mukulembeze mupya." }, { "english": "He will supervise the activities.", "luganda": "Ajja kulabirira emirimu." }, { "english": "The incidents will not be investigated.", "luganda": "Ebyaliwo tebijja kunoonyerezebwako." }, { "english": "He was free to choose whether to come to court or not.", "luganda": "Yali wa ddembe okusalawo okugenda mu kkooti oba obutagenda." }, { "english": "The funds have been released.", "luganda": "Ssente baaziwaddeyo." }, { "english": "Taxes are used to provide services to people", "luganda": "Ssente ezifunibwa mu misolo zikozesebwa okutuusa empeereza ku bantu." }, { "english": "Everyone is supposed to pay taxes.", "luganda": "Buli omu alina okusasula omusolo." }, { "english": "The organizations are working together to protect the area.", "luganda": "Ebibiina bikolera wamu okukuuma ekitundu." }, { "english": "She is in a meeting.", "luganda": "Ali mu lukungaana." }, { "english": "The government is going to buy cars for the members of parliament.", "luganda": "Gavumenti egenda kugulira ababaka ba paliyamenti emmotoka." }, { "english": "It is expensive to buy cars for all the members of parliament.", "luganda": "Kitwala ssente nnyingi nnyo okugulira ababaka ba paliyamenti bonna emmotoka." }, { "english": "The members of another party are not happy with the decision.", "luganda": "Ab'ekibiina ekirala si basanyufu na kyasaliddwawo." }, { "english": "The letter will be read in parliament.", "luganda": "Ebbaluwa ejja kusomebwa mu paliyamenti." }, { "english": "People who used the service before the tax was reduced will be paid.", "luganda": "Abantu abaakozesa enkola eyo ng'omusolo tegunnakendeezebwa bajja kusasulwa ssente." }, { "english": "Parliament will review the law.", "luganda": "Paliyamenti ejja kuddamu okwekenneenya etteeka eryo." }, { "english": "The law will be revised.", "luganda": "Etteeka lijja kukwatibwamu." }, { "english": "The final decision is yet to be made.", "luganda": "Tebannasalawo kya nkomeredde." }, { "english": "All members of parliament are going to receive cars.", "luganda": "Ababaka ba paliyamenti bonna bajja kuweebwa emmotoka." }, { "english": "Some members are not happy with the decision.", "luganda": "Ababaka abamu tebasanyukidde kyasaliddwawo." }, { "english": "The police shot at the rioters.", "luganda": "Poliisi yakubye amasasi mu baabadde beekalakaasa." }, { "english": "The increase in the tax rates made the people riot.", "luganda": "Okwongeza emisolo kwe kwaleetedde abantu okwekalakaasa." }, { "english": "The act of cutting down trees should be illegal.", "luganda": "Abatema emiti basaanidde okuvunaanibwa mu mateeka." }, { "english": "He will be punished for his crimes.", "luganda": "Ajja kubonerezebwa olw'ebikolwa ebimenya amateeka bye yakola." }, { "english": "Those who cut down trees will be punished.", "luganda": "Abo abatema emiti bajja kubonerezebwa." }, { "english": "The World Bank has investments in the county.", "luganda": "Bbanka y'ensi yonna ettadde ssente mu ggwanga." }, { "english": "The country's rate of economic growth is low.", "luganda": "Eby'enfuna by'eggwanga bikulira ku sipiidi ya wansi." }, { "english": "He is a criminal.", "luganda": "Mumenyi w'amateeka." }, { "english": "They refused to attend the elections.", "luganda": "Baagaana okulonda." }, { "english": "He was introduced by the chairman.", "luganda": "Ssentebe ye yamwanjula." }, { "english": "Laws have been put in place to ensure fair elections.", "luganda": "Amateeka gassiddwawo okukakasa nti okulonda kuba kwa bwenkanya." }, { "english": "The police will maintain law and order during the elections.", "luganda": "Poliisi ejja kukuuma emirembe n'obutebenkevu mu kiseera ky'okulonda." }, { "english": "The land should be given to the rightful owners.", "luganda": "Ettaka lisaanidde okuweebwa ba nnyini lyo abatuufu." }, { "english": "The land was given to the wrong person.", "luganda": "Ettaka lyaweebwa omuntu mukyamu." }, { "english": "The meeting could not be held.", "luganda": "Olukungaana terwasobola kubaawo." }, { "english": "The team lost their first game.", "luganda": "Ttiimu baagikuba omupiira gwayo ogwasooka." }, { "english": "The player says he will never forget his first game.", "luganda": "Omuzannyi agamba nti tasobola kwerabira mupiira gwe yasooka okuzannya." }, { "english": "They will start playing tomorrow.", "luganda": "Bajja kutandika okuzannya enkya." }, { "english": "The trip to Botswana was tiresome for the team.", "luganda": "Olugendo lwe baatambula okugenda e Botswana lwakooya nnyo ttiimu." }, { "english": "The team's win was celebrated.", "luganda": "Baajaganya olw'obuwanguzi ttiimu bwe yali etuuseeko." }, { "english": "The cricket team has no time to rest.", "luganda": "Ttiimu ya cricket terina budde kuwummula." }, { "english": "Businessmen do not understand how taxes work.", "luganda": "Abasuubuzi tebamanyi ngeri misolo gye gigerekebwamu." }, { "english": "The traders hate being taxed.", "luganda": "Abasuubuzi tebaagala kubasaba misolo." }, { "english": "African countries are learning how to use technology.", "luganda": "Ensi za Afirika zigenda ziyiga okukozesa tekinologiya." }, { "english": "The summit will be attended by people coming from different countries.", "luganda": "Olukungaana lujja kubaamu abantu abava mu mawanga ag'enjawulo." }, { "english": "The news is being reported live from Rwanda.", "luganda": "Amawulire gaweerezebwa butereevu okuva e Rwanda." }, { "english": "They air the news at night.", "luganda": "Baweereza amawulire ekiro." }, { "english": "Trade greatly depends on the port.", "luganda": "Eby'obusuubuzi bisinziira nnyo ku mwalo." }, { "english": "The port is no longer useful.", "luganda": "Omwalo tegukyakola." }, { "english": "The country is losing a lot of revenue because of the port.", "luganda": "Eggwanga lifiirwa ssente nnyingi olw'omwalo ogwo." }, { "english": "The floods destroyed people's homes.", "luganda": "Amataba gaayonoona amayumba g'abantu." }, { "english": "Heavy rains made the river overflow.", "luganda": "Enkuba ey'amaanyi yaviirako omugga okubooga." }, { "english": "The residents are now homeless.", "luganda": "Abantu tebakyalina wa kusula." }, { "english": "The flood destroyed the crops.", "luganda": "Amataba gaayonoona ebirime." }, { "english": "The government should provide supplies to assist them.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okubaweereza obuyambi." }, { "english": "Some children do not like being at home.", "luganda": "Abaana abamu tebaagala kuba waka." }, { "english": "Some parents mistreat their children.", "luganda": "Abazadde abamu batulugunya abaana baabwe." }, { "english": "Parents should protect their children.", "luganda": "Abazadde basaanidde okukuuma abaana baabwe." }, { "english": "The reporter has more information.", "luganda": "Omusasi alina ebisingawo." }, { "english": "More people are moving to towns.", "luganda": "Abantu bangi kati basengukira mu bibuga." }, { "english": "We need to take care of the environment.", "luganda": "Tusaanidde okufaayo ku butonde bw'ensi." }, { "english": "The district will be popular again.", "luganda": "Disitulikiti ejja kuddamu okwettanirwa." }, { "english": "The family wants its land back.", "luganda": "Ab'omu maka ago baagala baddizibwe ettaka lyabwe." }, { "english": "An official illegally took over the land.", "luganda": "Omukungu omu yatwala ettaka eryo nga taweereddwa lukusa." }, { "english": "They were advised to give up on the land.", "luganda": "Baagambibwa eby'ettaka eryo okubireka." }, { "english": "This incident is quite common.", "luganda": "Ebintu ng'ebyo bitera okubaawo." }, { "english": "Most government employees need training.", "luganda": "Abakozi ba gavumenti abasinga obungi beetaaga okutendekebwa." }, { "english": "It is important for the midwives to have annual training to promote knowledge dissemination.", "luganda": "Kikulu abazaalisa okutendekebwa buli mwaka okwongera okubunyisa okumanya." }, { "english": "The event marks the start of the activities.", "luganda": "Omukolo ogwo gulamba entandikwa y'emirimu." }, { "english": "The sports event was led by a girl.", "luganda": "Empaka ezo zaakulemberwamu muwala." }, { "english": "Most of the rubbish is dumped in the area.", "luganda": "Basuula kakasiro mungi mu kitundu." }, { "english": "Most businesses are shutting down due to the smell of the rubbish.", "luganda": "Bizineesi nnyingi ziggaddwawo olw'ekivundu ekiva mu kasasiro oyo." }, { "english": "There is no one to remove the rubbish.", "luganda": "Tewali aggyawo kasasiro oyo." }, { "english": "This is the information provided.", "luganda": "Bino bye byatutegeezeddwa." }, { "english": "Some areas have a weak internet connection.", "luganda": "Mu bifo ebimu intaneeti mbi." }, { "english": "All the information is available on the internet.", "luganda": "Ebintu byonna osobola okubifuna ku intaneeti." }, { "english": "Companies are working together to achieve this goal.", "luganda": "Kampuni zikolera wamu okutuuka ku kiruubirirwa ekyo." }, { "english": "Urban areas have many talented people.", "luganda": "Mu bibuga mulimu abantu bangi abalina ebitone." }, { "english": "It is good to grow your talent.", "luganda": "Kikulu okutumbula ekitone kyo." }, { "english": "The government should support individuals that are good at sports.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okussa ssente mu bantu abalina ekitone mu by'emizannyo." }, { "english": "Stationery is now being taxed.", "luganda": "Kati ebikozesebwa biggibwako omusolo." }, { "english": "Taking children back to school is now very expensive.", "luganda": "Okuzza abaana ku ssomero kati kitwala ssente nnyingi nnyo." }, { "english": "Stationery dealers do not want to pay the tax.", "luganda": "Abatunda ebikozesebwa tebaagala kusasula musolo." }, { "english": "Crushing rocks is dangerous to people's health.", "luganda": "Okwasa amayinja kya bulabe eri obulamu bw'abantu." }, { "english": "One of the king's names means he is perfect in all ways.", "luganda": "Erimu ku mannya ga kabaka litegeeza nti yatuukirira mu byonna by'akola." }, { "english": "A drum is an important symbol for the Kingdom.", "luganda": "Akabonero k'engoma kakulu nnyo mu bwakabaka." }, { "english": "She is researching the king's names.", "luganda": "Anoonyereza ku mannya ga kabaka." }, { "english": "His friends want to get him out of jail.", "luganda": "Mikwano gye baagala kumuggya mu kkomera." }, { "english": "The journalist could not pay his debt in court.", "luganda": "Munnamawulire yali tasobola kusasula bbanja lye mu kkooti." }, { "english": "The brigadier died eleven years ago.", "luganda": "Brigediya yafa emyaka kumi na gumu emabega." }, { "english": "The cause of the death was unknown.", "luganda": "Ekyamutta tekyamanyibwa." }, { "english": "Many people believed in him.", "luganda": "Abantu bangi baali bamukkiririzaamu." }, { "english": "The president was not happy with the doctors.", "luganda": "Abasawo baanyiiza pulezidenti." }, { "english": "The doctors are demanding their payment.", "luganda": "Abasawo baagala basasulwe ssente zaabwe." }, { "english": "They have decided to stay away from work.", "luganda": "Basazeewo obutakola." }, { "english": "Investors are looking for land.", "luganda": "Bayinvesita banoonya ttaka." }, { "english": "Investors shouldn't depend on politicians to get for the land.", "luganda": "Bayinvesita tebasaanidde kwesigama ku bannabyabufuzi kufuna ttaka." }, { "english": "The factory is on a large piece of land.", "luganda": "Ekkolero lyazimbibwa ku ttaka ddene." }, { "english": "A doctor complained when a foreigner was given a job in their department.", "luganda": "Omusawo omu yeemulugunya omugwira bwe yaweebwa omulimu mu kitongole kyabwe." }, { "english": "Foreign doctors will provide great support in hospitals.", "luganda": "Abasawo abagwira bajja kuyamba nnyo mu malwaliro." }, { "english": "The vaccines were fake.", "luganda": "Eddagala lyali ffu." }, { "english": "A spy was sent to collect information.", "luganda": "Omukessi yasindikibwa okubayamba okubaako bye bamanya." }, { "english": "The company made the vaccine.", "luganda": "Kampuni eyo ye yakola eddagala eryo." }, { "english": "The reporter will give us more information.", "luganda": "Omusasi ajja kutubuulira ebisingawo." }, { "english": "The forty-eight-hour rule is no longer being followed.", "luganda": "Etteeka erikwata ku ssaawa ana mu omunaana terikyagobererwa." }, { "english": "The new official promised to work hard.", "luganda": "Omukungu omupya yasuubiza okukola ennyo." }, { "english": "Some taxes will be increased.", "luganda": "Emisolo egimu gijja kwongezebwa." }, { "english": "The citizens do not want to pay more taxes.", "luganda": "Abatuuze tebaagala kwongezebwa misolo." }, { "english": "Why did he leave the organization?", "luganda": "Lwaki yava mu kibiina?" }, { "english": "The reporter had a conversation with him.", "luganda": "Omusasi yanyumyako naye." }, { "english": "The government took over the land illegally.", "luganda": "Gavumenti ettaka teyalifuna mu mateeka." }, { "english": "The area is now a forest reserve.", "luganda": "Kati ekifo ekyo kyafuuka kya kibira." }, { "english": "They were telling the truth.", "luganda": "Baali boogera mazima." }, { "english": "She showed more interest in her education.", "luganda": "Yali ayagala nnyo emisomo gye." }, { "english": "There are many qualified individuals but few jobs.", "luganda": "Abantu bangi batuukiriza ebisaanyizo naye emirimu mitono." }, { "english": "The available tools are no longer useful.", "luganda": "Eby'okukozesa ebiriwo tebikyagasa." }, { "english": "Are the Resident District Commissioners doing their work?", "luganda": "Ddala ba RDC bakola emirimu gyabwe?" }, { "english": "The officials do take their work seriously.", "luganda": "Abakungu emirimu gyabwe bagitwala nga mikulu." }, { "english": "Doctors are not happy that foreigners are getting employed in their sector.", "luganda": "Abasawo si basanyufu nti abagwira baweebwa emirimu mu malwaliro." }, { "english": "The local doctors should be considered for the jobs too.", "luganda": "Abasawo b'awano be bandibadde baweebwa emirimu egyo." }, { "english": "The organization has one week to correct the issues in the budget.", "luganda": "Ekitongole kirina wiiki emu okutereeza ensobi eziri mu mbalirira." }, { "english": "The kingdom doesn't want the two tenure systems to be joined.", "luganda": "Obwakabaka tebwagala nkola ezo ebbiri zigattibwe." }, { "english": "Everyone wants to be in charge.", "luganda": "Buli omu ayagala y'aba n'obuyinza." }, { "english": "There was a fight between taxi operators and minibus drivers.", "luganda": "Abavuzi ba takisi baalwanagana n'abavuzi ba minibbaasi." }, { "english": "The taxi drivers refused to raise their transport prices.", "luganda": "Abavuzi ba takisi baagaana okulinnyisa ebisale by'entambula." }, { "english": "The army needs more supplies.", "luganda": "Amagye geetaaga ebikozesebwa ebirala." }, { "english": "Large organizations were asked for assistance.", "luganda": "Ebibiina ebinene byasabibwa okuyamba." }, { "english": "The army disapproved the rumors.", "luganda": "Amagye gaagamba nti ebyali byogerwa tebyali bituufu." }, { "english": "The university students are planning to strike because of a tuition increase.", "luganda": "Abayizi ba yunivasite bategeka okwekalakaasa olw'okuba ssente za yunivasite baazongezza." }, { "english": "The university tuition fees have increased by fifteen percent.", "luganda": "Ssente za yunivasite bazongezza ebitundu kkumi na bitaano ku buli kikumi." }, { "english": "The judges have a lot of unfinished work.", "luganda": "Abalamuzi balina emirimu mingi gye batannamaliriza." }, { "english": "They will be punished if they don't do their work.", "luganda": "Bajja kubonerezebwa singa tebakola mulimu gwabwe." }, { "english": "The lawyer brought the evidence to the court.", "luganda": "Omulamuzi yaleeta obujulizi mu kkooti." }, { "english": "The patients walk long distances to get treatment.", "luganda": "Abalwadde batambula engendo mpanvu okugenda okufuna obujjanjabi." }, { "english": "The community does not have enough drugs.", "luganda": "Ekitundu tekiriimu ddagala limala." }, { "english": "The organization needs more money.", "luganda": "Ekibiina kikyetaaga ssente." }, { "english": "The minister condemned the dispute.", "luganda": "Minisita yavumiridde obutakkaanya obwo." }, { "english": "There is a need to settle the disagreement privately.", "luganda": "Beetaaga okugonjoola obutakkaanya nga bali bokka." }, { "english": "The examinations body has released the results.", "luganda": "Ekitongole ky'ebigezo kifulumizza ebyavudde mu bigezo." }, { "english": "The boys did not perform well.", "luganda": "Abalenzi tebaakoze bulungi." }, { "english": "Some students' results have been withheld.", "luganda": "Ebimu ku bigezo byakwatiddwa." }, { "english": "The author is a journalist with New Vision.", "luganda": "Omuwandiisi munnamawulire wa Newvision." }, { "english": "Wait for the full report during news time.", "luganda": "Mulindirire ebisingawo mu kiseera ky'amawulire." }, { "english": "The university is determined to maintain its position.", "luganda": "Yunivasite emaliridde okunywerera ku ky'ekkiriza." }, { "english": "The school has strengthened its team.", "luganda": "Essomero linywezezza ttiimu yaalyo." }, { "english": "They plan to put up a big structure.", "luganda": "Bateekateeka okuzimba ekizimbe ekinene." }, { "english": "The team is to be supported by the vice president.", "luganda": "Ttiimu egenda kuwagirwa omumyuka wa pulezidenti." }, { "english": "The manager has intimidated the opposing team.", "luganda": "Omutendesi atiisizza ttiimu gy'agenda okwanganga." }, { "english": "They have to win the game to qualify for the next round.", "luganda": "Balina okuwangula okusobola okwesogga oluzannya oluddako." }, { "english": "The three countries will benefit from the industry.", "luganda": "Amawanga asatu gajja kuganyulwa mu kkolero eryo." }, { "english": "The focus is on improving trade in the area.", "luganda": "Ekigendererwa kya kutumbula bya busuubuzi mu kitundu." }, { "english": "The government has been called upon to revise the taxes.", "luganda": "Gavumenti bagigambye okuddamu okutunula mu misolo gy'egereka." }, { "english": "He said that business is affected if the taxes are a lot.", "luganda": "Yagamba nti emisolo bwe giba emingi kikosa bizineesi." }, { "english": "The construction of the market has finally started.", "luganda": "Kyaddaaki batandise okuzimba akatale." }, { "english": "The contractor has been identified.", "luganda": "Eyakwasiddwa omulimu baamulanze." }, { "english": "The court has asked for the evidence.", "luganda": "Kkooti esabye obujulizi." }, { "english": "The defense lawyers want the case to be dismissed.", "luganda": "Bannamateeka ku ludda oluwaabiddwa baagala omusango gugobwe." }, { "english": "The rebel has been killed.", "luganda": "Omuyeekera attiddwa." }, { "english": "The rebels attacked the community.", "luganda": "Abayeekera baalumbye ekitundu." }, { "english": "The army has confirmed the event.", "luganda": "Amagye gaakakasizza ekyaliwo." }, { "english": "My neighbor is a soldier.", "luganda": "Muliraanwa wange mujaasi." }, { "english": "The death reports have been released.", "luganda": "Lipoota ezikwata ku baafudde zifulumiziddwa." }, { "english": "The police chief has distinguished the matter.", "luganda": "Omukulu wa poliisi ensonga agitutte nga nkulu." }, { "english": "The political party is not doing well financially.", "luganda": "Ekibiina ky'obufuzi tekikola bulungi mu bya nfuna." }, { "english": "The issue caused a dispute between the two leaders.", "luganda": "Ensonga eyo yaleetawo okusika omuguwa wakati w'abakulembeze abo ababiri." }, { "english": "The money will not be used to pay salaries.", "luganda": "Ssente ezo tezijja kukozesebwa kusasula misaala." }, { "english": "The aim is to fund the ongoing activities.", "luganda": "Ekiruubirirwa kya kussa ssente mu mirimu egigenda mu maaso." }, { "english": "The matter was unclear even after he had given his explanation.", "luganda": "Ensonga yasigala tetegeerekese n'oluvannyuma lw'okuwa ennyinnyonnyola ye." }, { "english": "The information annoyed the legislators.", "luganda": "Ebintu ebyo byanyiiza bannamateeka." }, { "english": "More businesses are expected to start.", "luganda": "Bizineesi nnyingi zisuubirwa okutandika." }, { "english": "The time spent on getting services will reduce.", "luganda": "Ebiseera abantu bye bamala nga bafuna empeereza bijja kukendeera." }, { "english": "His life has changed.", "luganda": "Obulamu bwe bukyuse." }, { "english": "He is a farmer.", "luganda": "Mulimi." }, { "english": "The officer was arrested.", "luganda": "Omupoliisi yakwatiddwa." }, { "english": "The truck driver ran away.", "luganda": "Omuvuzi wa loole yadduse." }, { "english": "They do not have electricity.", "luganda": "Tebalina masannyalaze." }, { "english": "The residents want the electricity to be extended to them.", "luganda": "Abatuuze nabo baagala baweebwe amasannyalaze." }, { "english": "The dams are constructed on the community rivers.", "luganda": "Amabibiro gazimbiddwa ku migga egiri mu kitundu kyabwe." }, { "english": "Is the police chief still in control of the police?", "luganda": "Ddala omukulu wa poliisi akyalina obuyinza mu poliisi?" }, { "english": "Security agents are continuously breaking the law.", "luganda": "Buli lukya abakuuma ddembe beeyongera okumenya amateeka." }, { "english": "The women's group is seeking justice for those who were killed.", "luganda": "Ekibiina ky'abakazi kinoonya obwenkanya ku lw'abo abattibwa." }, { "english": "They did not register everyone.", "luganda": "Si buli omu nti yawandiisibwa." }, { "english": "The lawyer wants the government to be condemned for its actions.", "luganda": "Munnamateeka ayagala gavumenti evunaanibwe olw'ebikolwa byayo." }, { "english": "The law is silent on the matter.", "luganda": "Amateeka tegoogera ku nsonga eyo." }, { "english": "The compensation for the war victims has taken long to be paid.", "luganda": "Abaakosebwa entalo baluddewo okubaliyirira." }, { "english": "They assume that their money has been misused.", "luganda": "Balowooza nti ssente zaabwe zibulankanyiziddwa." }, { "english": "The detail will be revealed at the evening news hour.", "luganda": "Ebisingawo bijja kutegeezebwa abantu mu mawulire g'olweggulo." }, { "english": "She has changed over time.", "luganda": "Ekiseera bwe kigenze kiyitawo akyuse." }, { "english": "She came fifth during the race.", "luganda": "Yakwata kya kutaano mu mpaka." }, { "english": "A student from the institution won the race.", "luganda": "Omuyizi w'ettendekero ye yawangula empaka." }, { "english": "They are worried about the delays at the border.", "luganda": "Beeraliikirivu olw'okukandaalirira okuli ku nsalo." }, { "english": "The legislators have looked into the issue.", "luganda": "Bannamateeka batunudde mu nsonga eyo." }, { "english": "The residents have unregistered guns.", "luganda": "Abatuuze balina emmundu ezitali mpandiise." }, { "english": "Eight people have been killed within one month.", "luganda": "Abantu munaana battiddwa mu mwezi gumu." }, { "english": "He was found dead in his room.", "luganda": "Yasangiddwa ng'afiiridde mu nnyumba ye." }, { "english": "The matter is still being studied.", "luganda": "Ensonga eyo bakyagyekenneenya." }, { "english": "The country has been praised by an international organization.", "luganda": "Eggwanga litenderezeddwa ekibiina ky'ensi yonna." }, { "english": "There is a call to involve more women in farming.", "luganda": "Bakuba omulanga okwongera ku muwendo gw'abakazi abeenyigira mu bulimi." }, { "english": "She will provide the details.", "luganda": "Ajja kutubuulira ebisingawo." }, { "english": "They want the boss to resign.", "luganda": "Baagala mukama waabwe alekulire." }, { "english": "They do not want something very hard.", "luganda": "Tebaagala kintu kizibu nnyo." }, { "english": "The institution should carry out its duties.", "luganda": "Ekitongole kirina okukola emirimu gyakyo." }, { "english": "Many people cannot maintain the practice.", "luganda": "Abantu bangi tebasobola kusigala nga bakola ebintu ebyo." }, { "english": "Fortunately he has been saving for a long time.", "luganda": "Ekirungi yamala ebbanga ddene ng'alina ssente z'aterekawo." }, { "english": "His savings helped him during his retirement.", "luganda": "Ssente ze yatereka zaamuyamba mu kiseera we yawummulira ku mulimu." }, { "english": "The former prime minister is campaigning.", "luganda": "Eyaliko ssaabaminisita kati akuba kampeyini." }, { "english": "They have been urged to learn from others.", "luganda": "Bakubiriziddwa okuyigira ku balala." }, { "english": "He has asked them to use all platforms.", "luganda": "Abakubirizza okukozesa enkola zonna." }, { "english": "He will break down the news further.", "luganda": "Ajja kwongera okumenyaamenyamu amawulire." }, { "english": "The school is worrying the residents.", "luganda": "Essomero lyeraliikiriza abayizi." }, { "english": "The buildings have cracks.", "luganda": "Ebizimbe birimu enjatika." }, { "english": "The health status in the area is not good.", "luganda": "Embeera y'eby'obulamu mu kitundu si nnungi." }, { "english": "The story will be shown during the news hour.", "luganda": "Emboozi eyo ejja kulagibwa mu mawulire." }, { "english": "It will be shown on television.", "luganda": "Ejja kulagibwa ku ttivi." }, { "english": "The legislators are not happy with the conduct of the companies.", "luganda": "Bannamateeka si basanyufu olw'engeri kampuni gye zeeyisaamu." }, { "english": "The office should protect the people against crime.", "luganda": "Ofiisi esaanidde okukuuma abantu baleme kutuusibwako bulabe." }, { "english": "There is a need to have the law examined.", "luganda": "Amateeka geetaaga okwekenneenyezebwa." }, { "english": "The organization wants to be involved in the management of the funds.", "luganda": "Ekibiina kyagala kyenyigire mu nzirukanya ya ssente." }, { "english": "The residents were shocked by the discovery of the body.", "luganda": "Abatuuze baakubwa entiisa ng'omulambo guzuuliddwa." }, { "english": "The deceased was operating a saloon.", "luganda": "Eyattibwa yali akola mu saluuni." }, { "english": "The schools are still waiting for the decision of the government.", "luganda": "Amasomero gakyalinze ekyo gavumenti ky'eneesalawo." }, { "english": "A request for a holiday has been given to the leader.", "luganda": "Omukulembeze baamusabye abawe oluwummula." }, { "english": "The religious leader is in the country for four days.", "luganda": "Omukulembeze w'eddiini ali mu ggwanga okumala ennaku nnya." }, { "english": "The run is aimed at raising funds.", "luganda": "Emisinde gigendereddwa kufuna ssente." }, { "english": "She will also be at the event.", "luganda": "Naye ajja kuba ku mukolo ogwo." }, { "english": "The culture of saving money is developed over time.", "luganda": "Empisa ey'okutereka ssente omuntu agenda agifuna mpolampola." }, { "english": "Some people retire into poverty.", "luganda": "Abantu abamu we bawummula ku mulimu bafuuka baavu." }, { "english": "Politicians do not save money for the future.", "luganda": "Bannabyabufuzi tebatereka ssente zinaabayamba mu biseera bya mu maaso." }, { "english": "They are regretting their actions.", "luganda": "Bejjusa bye baakola." }, { "english": "The members have understood the value of having some savings.", "luganda": "Bamemba bategedde omugaso gw'okuterekawo ssente." }, { "english": "The aim was to educate as many children as possible.", "luganda": "Ekigendererwa kyali kya kusomesa abaana bangi nga bwe kisoboka." }, { "english": "His intention is very unclear.", "luganda": "Ebigendererwa bye tebitegeerekeka." }, { "english": "The country loses a lot of money in disputes.", "luganda": "Eggwanga lifiirwa ssente nnyingi mu butakkanya." }, { "english": "The religious leader was assassinated.", "luganda": "Omukulembeze w'eddiini yattibwa." }, { "english": "The journalist wants to understand the whole story.", "luganda": "Munnamawulire ayagala kutegeera kalonda yenna akwata ku byaliwo." }, { "english": "The commission has handed in its provisional report.", "luganda": "Ekitongole kiwaddeyo lipoota yaakyo esooka." }, { "english": "The findings of the team have been given to the president.", "luganda": "Tiimu bye yazudde biweereddwa pulezidenti." }, { "english": "The country prides itself on the life of the deceased religious leader.", "luganda": "Eggwanga lyenyumiriza mu bulamu bw'omukulembeze w'eddiini eyafudde." }, { "english": "Memorial Day is approaching soon.", "luganda": "Olunaku lw'okumujjukira lunaatera okutuuka." }, { "english": "His life is inspirational.", "luganda": "Obulamu bwe bukwata ku balala." }, { "english": "The day of his memorial is a public holiday.", "luganda": "Olunaku kwe bamujukirira luba lunaku lwa kuwummula." }, { "english": "The officers will be punished.", "luganda": "Abasirikale bajja kubonerezebwa." }, { "english": "Some officers have already been arrested.", "luganda": "Abasirikale abamu baamala dda okukwatibwa." }, { "english": "The move has been welcomed by different people.", "luganda": "Ekyo abantu ab'enjawulo bakisiimye." }, { "english": "This should be a learning experience.", "luganda": "Kino kisaanidde okuwa abalala eky'okuyiga." }, { "english": "The government has been asked to create a conducive environment for farmers.", "luganda": "Gavumenti esabiddwa okuteerawo abalimi embeera ennungi." }, { "english": "The land title acquired by the minister has been canceled.", "luganda": "Ekyapa ky'ettaka minisita kye yafuna kisaziddwamu." }, { "english": "The police are looking into the conduct of some of its officers.", "luganda": "Poliisi yeetegereza enneeyisa y'abamu ku basirikale baayo." }, { "english": "They have contributed to the well-being of the community.", "luganda": "Bayambye nnyo mu kutumbula embeera y'obulamu bw'abantu." }, { "english": "The move was aimed at rewarding the company's customers.", "luganda": "Ekyakolebwa kyagenderera kuwa mpeera bakasitoma ba kampuni." }, { "english": "Cancer should be reported at the earliest stage of discovery.", "luganda": "Kookolo alina okulopebwa eri abasawo nga bukyali." }, { "english": "The doctor stated that the disease is on the rise amongst children.", "luganda": "Dokita yagamba nti obulwadde obwo bweyongedde nnyo mu baana." }, { "english": "The leader has been asked to explain how the money was used.", "luganda": "Omukulembeze asabiddwa okunnyonnyola engeri ssente gye zaakozesebwamu." }, { "english": "The legislators want to know why refugees are made to pay.", "luganda": "Bannamateeka baagala okumanya ensonga lwaki abanoonyi b'obubudamu babasasuza." }, { "english": "The country lost a lot of money due to lack of supervision over the activity.", "luganda": "Eggwanga lyafiirwa ssente nnyingi olw'obutaba na kalabaalaba w'omulimu." }, { "english": "The minister said that the letter was not written by him.", "luganda": "Minisita yagambye nti ebbaluwa si ye yagiwandiika." }, { "english": "He was asked to sign.", "luganda": "Yasabiddwa okuteekako omukono." }, { "english": "The coffee farmers have been urged to form groups.", "luganda": "Abalimi ba kaawa basabiddwa okwekolamu ebibinja." }, { "english": "Many farmers have left the practice.", "luganda": "Abalimi bangi baleseeyo obulimi." }, { "english": "Child marriages are on the rise in the country.", "luganda": "Omuwendo gw'abaana mu ggwanga abafumbizibwa gweyongera buli lukya." }, { "english": "The parents are behind the practice.", "luganda": "Abazadde be bali emabega w'ekikolwa ekyo." }, { "english": "She is a grandmother at a young age.", "luganda": "Afuuse jjajja ku myaka emito." }, { "english": "The lending rate has been reduced.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu be bawola gukendedde." }, { "english": "This is aimed at enabling business continuity.", "luganda": "Ekyo kigendereddwa okutwala bizineesi mu maaso." }, { "english": "Non-government schools continue to perform better than government schools.", "luganda": "Amasomero agatali ga gavumenti gakyeyongera okukola obulungi okusinga amasomero ga gavumenti." }, { "english": "The performance of traditional schools is poor.", "luganda": "Amasomero gakaasangwawo gakola bubi." }, { "english": "Parents choose schools in the city over schools in the village.", "luganda": "Abazadde balondawo masomero gali mu kibuga so si ag'omu kyalo." }, { "english": "The performance of girls in that school has improved.", "luganda": "Abawala b'omusomero eryo kati bakola bulungi." }, { "english": "The program was introduced to level the education field.", "luganda": "Programu eyo yatandikibwa okutumbula eby'enjigiriza." }, { "english": "The target has not yet been met.", "luganda": "Ekigendererwa tekinnatuukibwako." }, { "english": "Many schools are willing to accept students with low grades.", "luganda": "Amasomero mangi meetegefu okukkiriza abayizi abalina obubonero obwa wansi." }, { "english": "The exercise aims to select students who will be admitted.", "luganda": "Ekigendererwa ky'ekyo kwe kulonda abayizi abajja okuwandiisibwa." }, { "english": "The football team will be visiting its competitors.", "luganda": "Tiimu y'omupiira ejja kukyalira b'egenda okuvuganya n'abo." }, { "english": "The revelation was made this morning in the capital city.", "luganda": "Ekyo kyamanyisiddwa leero mu kibuga ekikulu." }, { "english": "Many people lack proper information on condoms.", "luganda": "Abantu bangi tebalina bubaka butuufu bukwata ku kondomu." }, { "english": "The announcement is in line with the celebrations.", "luganda": "Ekirango kikwatagana n'emikolo." }, { "english": "Four people are competing for the position.", "luganda": "Waliwo abantu bana abavuganya ku kifo." }, { "english": "The major battle is between two contestants.", "luganda": "Olutalo olw'amaanyi luliwo wakati w'abavuganya babiri." }, { "english": "The land was given to investors without proper authorization.", "luganda": "Ettaka lyaweebwa bayinvesita nga tebagoberedde mateeka matuufu." }, { "english": "The statement was made by the chairperson.", "luganda": "Ekyo ssentebe ye yakyogera." }, { "english": "Her contacts lost money to fraudsters.", "luganda": "Abafere babba ssente ku bantu abali mu ssimu ye." }, { "english": "The leader of the police force had also been targeted.", "luganda": "Omukulu wa poliisi naye baali baagala okumubba." }, { "english": "He wants to change the organization.", "luganda": "Ayagala kukyusakyusa mu kibiina." }, { "english": "The board needs to be looked into.", "luganda": "Akakiiko keetaaga okutunulwamu." }, { "english": "He has been accused of being involved in other crimes.", "luganda": "Avunaanibwa okwenyigira ne mu misango emirala." }, { "english": "They did not respond to the allegations.", "luganda": "Ebyo ebyabavunaanibwa tewali kye baabyogerako." }, { "english": "He contested the terms of his release on bail.", "luganda": "Yawakanya obukwakulizo bwe baali bamuteereddewo okumuta ku kakalu ka kkooti." }, { "english": "There was a lot of confusion at the court.", "luganda": "Waaliwo okutabulwatabulwa kungi ku kkooti." }, { "english": "There is new information coming in at nine o'clock.", "luganda": "Waliwo obubaka obupya obuleetebwa ku ssaawa ssatu." }, { "english": "The army asked the teachers and pupils to leave the school.", "luganda": "Ab'amagye basaba abasomesa n'abayizi okwamuka mu ssomero." }, { "english": "Some parents were beaten.", "luganda": "Abazadde abamu baakubibwa." }, { "english": "The army claims that it owns the land.", "luganda": "Ab'amagye bagamba nti ettaka lyabwe." }, { "english": "The news will be live.", "luganda": "Amawulire gajja kuweerezebwa butereevu." }, { "english": "The behavior of the police is being questioned.", "luganda": "Enneeyisa ya poliisi eriko akabuuza." }, { "english": "The people do not know what should be done.", "luganda": "Abantu tebamanyi kirina kukolebwa." }, { "english": "A special guest will be teaching the people about their rights.", "luganda": "Omugenyi ow'enjawulo ajja kuyigiriza abantu ebikwata ku ddembe lyabwe." }, { "english": "The cause of violence among the youth is not yet known.", "luganda": "Ekireetera abavubuka okwenyigira mu bikolwa eby'obukambwe tekimanyiddwa." }, { "english": "Some people shared their views on the matter.", "luganda": "Abantu abamu baawa ebirowoozo byabwe ku nsonga." }, { "english": "The group is advocating for a better system of taxation.", "luganda": "Ekibinja kyagala ennongosereza mu by'omusolo." }, { "english": "The government has been given ideas on how to collect taxes.", "luganda": "Gavumenti eweereddwa amagezi ku ngeri y'okusoloozaamu omusolo." }, { "english": "The police has been instructed to arrest the self-made King.", "luganda": "Poliisi yagambibwa okukwata eyeefuula Kabaka." }, { "english": "He is not recognized by the government.", "luganda": "Tamanyiddwa gavumenti." }, { "english": "The region has not been rewarded properly.", "luganda": "Ekitundu tekyaweebwa mpeera mu butongole." }, { "english": "The security agents were told by the friend.", "luganda": "Mukwano gwe ye yatemya ku bakuuma ddembe." }, { "english": "The matter followed a domestic violence complaint.", "luganda": "Ensonga yagobererwa okuwabwa kw'okutulugunyizibwa mu maka." }, { "english": "He was found at his home.", "luganda": "Yasangibwa mu maka ge." }, { "english": "The practice has been condemned.", "luganda": "Ekikolwa ekyo tekikkirizibwa." }, { "english": "The police has defended their conduct.", "luganda": "Poliisi yeewozaako." }, { "english": "It was never expected of a religious leader.", "luganda": "Ekyo kya tekisuubirwa mu mukulembeze w'eddiini." }, { "english": "The president was asked not to contest again.", "luganda": "Pulezidenti yasabibwa obutavuganya mulundi mulala." }, { "english": "The second round of the competition is back.", "luganda": "Omulundi ogw'okubiri ogw'okuvuganya gutuuse." }, { "english": "A good number of games will be played.", "luganda": "Emizannyo egiwerako gijja kuzannyibwa." }, { "english": "They are driven by the desire to be successful.", "luganda": "Batwalirizibwa okwegomba kw'okutuuka kubuwanguzi." }, { "english": "Many start-up companies die early.", "luganda": "Kampuni nnyingi eziba zaakatandikibwawo zigwa mangu." }, { "english": "Successful businesses are not easy to maintain.", "luganda": "Bizineesi ezikola obulungi si nnyangu za kukuuma nga zitambula bulungi." }, { "english": "How can success be sustained?", "luganda": "Obuwanguzi busobola kufunibwa butya." }, { "english": "He has signed a contract with another football team.", "luganda": "Asizza omukono ku ndagaano ne tiimu y'omupiira endala." }, { "english": "There are quite many others in that field.", "luganda": "Waliwo abalala bangi mu nsiike eyo." }, { "english": "The move does not resolve the problem.", "luganda": "Ekyakolebwa tekigonjoola kizibu." }, { "english": "The act is seen as a waste of time and resources.", "luganda": "Ekyakolebwa kitwalibwa ng'okwonoona obudde ne ssente." }, { "english": "The games will start next week.", "luganda": "Emizannyo gijja kutandika wiiki ejja." }, { "english": "Four teams will be playing against each other.", "luganda": "Tiimu nnya ze zijja okuvuganya." }, { "english": "How does everyone lookout for the other?", "luganda": "Buli omu abeera atya kalabalaba w'omulala." }, { "english": "There is currently no law.", "luganda": "Mu kiseera kino tewali tteeka." }, { "english": "Law enforcement agents apply what they think is right.", "luganda": "Abakwasisa amateeka bagoberera ekyo kye balowooza nti kituufu." }, { "english": "How is the community affected by the actions of the police?", "luganda": "Enneeyisa ya poliisi ekwata etya ku bantu?" }, { "english": "The security agents wanted to arrest the suspects again.", "luganda": "Abakuuma ddembe baali baagala okuddamu okukwata abateeberezebwa okuzza omusango." }, { "english": "The accusations are false.", "luganda": "Ebibavunaanyibwa bya bulimba." }, { "english": "The leading council has made changes to its leadership structure.", "luganda": "Akakiiko akakulembeze kakoze enkyukakyuka mu mukulembeze bwaako." }, { "english": "The focus is on bringing the services closer to the people.", "luganda": "Essira lya kusembeza buweereza eri abantu." }, { "english": "The program has not yet been implemented.", "luganda": "Programu tetekebwanga mu nkola." }, { "english": "The focus was on the rural population.", "luganda": "Essira lyali ku bantu bo mu byalo." }, { "english": "The poor storage of cassava affects its quality.", "luganda": "Entereka ya muwogo embi ekosa omutindo gwa muwogo." }, { "english": "The soil in our village is very fertile.", "luganda": "Ettaka ly'omu kyalo kyaffe ggimu nnyo." }, { "english": "The farmers have got high yields this season.", "luganda": "Abalimi bafunye amakungula mangi sizoni eno." }, { "english": "The leader is not happy with the way some companies operate.", "luganda": "Omukulembeze si musanyufu ku ngeri kampuni ezimu gye zikolamu emirimu." }, { "english": "Some families in the country can't afford electricity.", "luganda": "Amaka agamu tegasobola kusasula masanyalaze." }, { "english": "The investigation report was very useful to the officer.", "luganda": "Alipoota ekwata ku byazuulibwa mu kunoonyereza yayamba nnyo omusirikale." }, { "english": "Everything has been included in the report.", "luganda": "Buli kimu kyali kiteereddwa mu alipoota." }, { "english": "She was severely burnt by the acid.", "luganda": "Asidi yamwokya nnyo." }, { "english": "The court of law has a right to grant bail with or without a doubt.", "luganda": "Kkooti erina eddembe okuwa omuntu akakalu ka kkooti ka kibe nti waliwo okubuusabuusa oba nedda." }, { "english": "What are the causes of unending wars in Africa?", "luganda": "Biki ebireetera entalo z'omu Afirika obutakoma?" }, { "english": "Some African countries withdrew from the African Union.", "luganda": "Amawanga ga Afirika agamu gaava mu Mukago gw'Amawanga ga Afirika." }, { "english": "The United Nations High Commissioner for Refugees offers financial assistance to refugees.", "luganda": "Ekitongole kya United Nations High Commissioner for Refugees kiwa abanoonyi b'obubudamu obuyambi bw'ensimbi." }, { "english": "The government is investigating allegations of corruption by officials in the refugee department.", "luganda": "Gavumenti ekola okunoonyereza ku bigambibwa nti abakungu b'omu kitongole ekikola ku banoonyi b'obubudamu balya enguzi." }, { "english": "The prison sentence for firearms possession is ten years.", "luganda": "Okusangibwa n'emmundu okuweebwa ekibonerezo kya kusibibwa myaka kkumi." }, { "english": "Two people were killed during the night security operation in our town.", "luganda": "Abantu babiri be battibwa abakuuma ddembe bwe baali bakola ekikwekweto ekiro mu kabuga kaffe." }, { "english": "The newspaper has published job vacancies in the Ministry of Health.", "luganda": "Olupapula lw'amawulire lufulumizza emirimu mu kitongole ky'eby'obulamu." }, { "english": "This financial report has many loopholes.", "luganda": "Alipoota y'eby'enfuna erimu ebituli bingi." }, { "english": "She is going to tell you everything about that issue.", "luganda": "Agenda kukubuulira buli kimu ekikwata ku nsonga eyo." }, { "english": "It is a very good plan for the future of our country.", "luganda": "Enteekateeka eyo nnungi ku lw'ebiseera eby'ensi yaffe eby'omu maaso." }, { "english": "Some kingdom officials are not comfortable with the government plan.", "luganda": "Abakungu b'obwakabaka abamu si bamativu n'enteekateeka ya gavumenti." }, { "english": "This shop mainly deals in cosmetic products.", "luganda": "Edduuka lino okusingira ddala litunda bizigo." }, { "english": "The company has branches in several towns in the country.", "luganda": "Kampuni erina amatabi mu bubuga obuwerako mu ggwanga." }, { "english": "The women in our village apply beauty products.", "luganda": "Abakazi mu kyalo kyaffe beekolako." }, { "english": "My son is pursuing a course in building and construction.", "luganda": "Mutabani wange asoma bya kuzimba." }, { "english": "There is tight competition between the local and foreign oil companies in Uganda.", "luganda": "Waliwo okuvuganya kwa maanyi wakati wa kampuni z'amafuta eziri mu Uganda n'ez'ebweru." }, { "english": "The parliamentary committee has delayed passing the bill.", "luganda": "Paliyamenti ekeereye okuyisa etteeka." }, { "english": "Today's English news anchor was very fluent and clear.", "luganda": "Asomye amawulire z'Olungereza leero agasomye bulungi nnyo." }, { "english": "This school is under the Kampala Capital City Authority.", "luganda": "Essomero lino liri wansi wa KCCA." }, { "english": "The old buildings in all city authority schools are under renovation.", "luganda": "Ebizimbe ebikadde mu masomero ga KCCA biri mu kudaabirizibwa." }, { "english": "Several schools will participate in the upcoming marathon.", "luganda": "Amasomero mangi gajja kwenyigira mu misinde egijja." }, { "english": "The sports event will take place at the school's playground.", "luganda": "Gijja kubeera ku kisaawe ky'essomero." }, { "english": "The rate of unemployment amongst the youths in the country is very high.", "luganda": "Omuwendo gw'abavubuka mu ggwanga abatalina mirimu gweyongedde nnyo." }, { "english": "There is too much exploitation of foreign workers in some countries.", "luganda": "Abakozi abagwira banyigirizibwa nnyo mu mawanga agamu." }, { "english": "Modern slavery is very rampant in Asian countries.", "luganda": "Mu mawanga g'Abawalabu mangi abantu babakozesa nga baddu." }, { "english": "We are breaking off for our Easter holidays this Thursday.", "luganda": "Olwokuna luno tugenda mu luwummula lwa Ppasika." }, { "english": "Christians are called upon to show a good example in their communities.", "luganda": "Abakristaayo basabibwa okweyisa obulungi mu bitundu byabwe." }, { "english": "Some people are addicted to cigarette smoking in our community.", "luganda": "Abantu abamu mu kitundu kyaffe balina omuze gw'okunywa sigala." }, { "english": "The government banned the smoking of cigarettes in public places.", "luganda": "Gavumenti yawera okunywa sigala mu bifo ebya lukale." }, { "english": "Health workers have warned people against the dangers of cigarette smoking.", "luganda": "Ab'eby'obulamu balabudde abantu ku kabi akali mu kunywa sigala." }, { "english": "Wars lead to the loss of people's lives and property.", "luganda": "Entalo ziviirako abantu okufiirwa obulamu bwabwe n'ebintu." }, { "english": "Some of them were compensated a few years ago.", "luganda": "Abamu ku bo baayiririrwa emyaka mitono emabega." }, { "english": "Some war victims complained about the package that they received.", "luganda": "Abamu ku abo abakosebwa olutalo beemulugunya ku ebyo ebyabaweebwa." }, { "english": "I have added more information to this month's report.", "luganda": "Nyongeddemu obubaka mu alipoota y'omwezi guno." }, { "english": "He was once the chief justice of the Supreme Court.", "luganda": "Yaliko omulamuzi wa Kkooti Ensukkulumu." }, { "english": "Our case has been forwarded to the High Court.", "luganda": "Omusango gwaffe guweerezeddwa ku Kkooti Enkulu." }, { "english": "The journalist has full details of the story.", "luganda": "Munnamawulire alina kalonda yenna ku byaliwo." }, { "english": "Communities with large numbers of refugees experience a high rate of disease spread.", "luganda": "Mu bitundu ebirimu abanoonyi b'obubudamu abangi endwadde zisaasaanira ku sipiidi ya waggulu." }, { "english": "Many refugees lack access to employment education and medical care.", "luganda": "Abanoonyi b'obubudamu bangi tebasobola kufuna mirimu buyigirize na bujjanjabi." }, { "english": "The deceased has left behind many widows and helpless children.", "luganda": "Omugenzi alese bannamwandu n'abaana bangi abatalina mwasirizi." }, { "english": "The attackers came in a big group.", "luganda": "Abaakola obulumbaganyi bajjira mu kibinja kinene." }, { "english": "Many residents were left homeless.", "luganda": "Abatuuze bangi baasigala tebalina wa kusula." }, { "english": "He got the full details of the story from one of the eyewitnesses.", "luganda": "Yafuna kalonda yenna ku oyo eyaliwo nga bibaawo." }, { "english": "The heads of state reached an agreement.", "luganda": "Abakulembeze b'amawanga baatuuka ku nzikiriziganya." }, { "english": "The head of state has gone for a foreign visit.", "luganda": "Omukulembeze w'eggwanga afulumye ebweru w'eggwanga." }, { "english": "He submitted this report yesterday.", "luganda": "Yawaddeyo alipoota eno jjo." }, { "english": "I heard about the arrests over the news.", "luganda": "Eby'okukwatibwa kwabwe nnabiwuliridde ku mawulire." }, { "english": "Eight people have been killed within one month.", "luganda": "Abakazi abakubi b'ebikonde batono mu ggwanga." }, { "english": "Our national boxing team performed well in last year's international games.", "luganda": "Ttiimu yaffe ey'abakubi b'ebikonde yakola bulungi mu mpaka z'amawanga ag'enjawulo ez'omwaka oguwedde." }, { "english": "All civil servants are supposed to be well qualified in their fields of work.", "luganda": "Abakozi ba gavumenti bonna balina okuba nga batuukiriza ebisaanyizo okukola emirimu gye bakola." }, { "english": "This will improve the quality of work in government ministries.", "luganda": "Ekyo kijja kulongoosa mu nkola y'emirimu mu bitongole bya gavumenti." }, { "english": "Several companies have sponsored different football clubs in the Uganda national league.", "luganda": "Kampuni ezitali zimu zivujjiridde ttiimu z'omupiira ezeetaba mu liigi ya Uganda." }, { "english": "It is one of the best football teams in the national league.", "luganda": "Y'emu ku ttiimu ezisinga okukola obulungi mu liigi y'eggwanga." }, { "english": "All African countries sent delegates to the trade conference.", "luganda": "Amawanga ga Afirika gonna gaasindika ababaka mu lukungaana lw'eby'obusuubuzi." }, { "english": "Some of the senior economists in the country supported the idea.", "luganda": "Abamu ku bakugu mu by'enfuna mu ggwanga baasemba ekirowoozo ekyo." }, { "english": "He was reporting live from the conference room.", "luganda": "Yali aweereza butereevu ng'asinziira mu kizimbe omwali olukungaana." }, { "english": "The media company has supported the music talent for many years.", "luganda": "Kampuni y'eby'empuliziganya ewagidde abalina ebitone by'okuyimba okumala emyaka mingi." }, { "english": "Some songs played on this show bring back good memories.", "luganda": "Ezimu ku nnyimba ezizannyibwa mu progamu eyo zitujjukiza ebintu ebirungi eby'edda." }, { "english": "Many experienced musicians are expected to perform in that concert.", "luganda": "Abayimbi bangi abalina obumanyirivu basuubirwa okuyimba mu kivvulu ekyo." }, { "english": "People are eagerly waiting for that moment to come.", "luganda": "Abantu beesunga nnyo ekiseera ekyo." }, { "english": "He is the chief organizer of the upcoming music event.", "luganda": "Ye mutegesi omukulu ow'ekivvulu ekijja." }, { "english": "This company has many departments.", "luganda": "Kampuni eno erimu ebitongole bingi ." }, { "english": "The agreement was announced at a press briefing held at the headquarters.", "luganda": "Endagaano yalangiriddwa eri bannamawulire ku kitebe ekikulu." }, { "english": "The company has been permitted to operate freely.", "luganda": "Kampuni baagiwadde olukusa okukola awatali kigikuba ku mukono." }, { "english": "They are not the rightful owners of the land.", "luganda": "Si be bannannyini ttaka." }, { "english": "Our team has gone to find out the truth about the matter.", "luganda": "Ttiimu yaffe egenze okuzuulira ddala ekituufu ." }, { "english": "The expansion plan of Kampala district has excited its residents.", "luganda": "Enteekateeka ez'okugaziya disitulikiti ya Kampala zisanyusizza Bannakampala." }, { "english": "People in Kampala voted for their new leaders yesterday.", "luganda": "Abantu b'omu Kampala jjo lwe baalonze abakulembeze baabwe." }, { "english": "His report was not clear at all.", "luganda": "Alipoota ye yabadde tetegeerekeka n'akatono." }, { "english": "That detention center is located in Jinja district.", "luganda": "Ekifo we bakuumirwa kiri mu disitulikiti y'e Jinja." }, { "english": "The officer in charge told us the truth about the detention center.", "luganda": "Omusirikale abavunaanyizibwako yatubuulidde ekituufu ku kifo gye bakuumirwa." }, { "english": "There are several cases of judicial corruption witnessed in the country.", "luganda": "Waliwo obulyi bw'enguzi bungi mu kitongole ekiramuzi eky'eggwanga." }, { "english": "The newly appointed chief judge has dealt with many criminal cases.", "luganda": "Omulamizi omukulu eyaakalondebwa alamudde emisango mingi egy'obumenyi bw'amateeka." }, { "english": "What is the main role of a judge?", "luganda": "Obuvunaanyizibwa bw'omulamuzi obusinga obukulu bwe buliwa?" }, { "english": "The banking sector contributes a lot to the development of an economy.", "luganda": "Bbanka ziyamba nnyo mu kuleetawo enkulaakulana mu by'enfuna." }, { "english": "Banks should look at the credit history of a person before issuing a loan.", "luganda": "Bbanka zirina okwekenneenya ennyingiza ya ssente ey'omuntu nga tezinnamuwola ssente." }, { "english": "The journalist reported about the challenges financial institutions are facing.", "luganda": "Munnamawulire yayogedde ku kusoomooza ebitongole bya ssente kwe bisanga." }, { "english": "Chronic back pain is very common among elderly people.", "luganda": "Abakaddiye batera okulumwa omugongo." }, { "english": "We have very few orthopedic surgeons in the country.", "luganda": "Tulina abasawo b'amagumba batono nnyo mu ggwanga." }, { "english": "Some officials deserve to be punished for their bad conduct.", "luganda": "Abakungu abamu baba bagwana okubonerezebwa olw'ebikolwa ebibi bye bakola." }, { "english": "They were caught red-handed by one of the camp residents.", "luganda": "Omu ku bali mu nkambi yabakutte lubona." }, { "english": "Buganda land board offices are located at Bulange-Mengo.", "luganda": "Ofiisi z'ekitongole kya Buganda eky'ettaka ziri Bulange e Mengo." }, { "english": "Some opposition leaders criticize the ruling party programs.", "luganda": "Abamu ku bakulembeze ku ludda oluvuganya gavumenti bavumirira enteekateeka z'ekibiina ekiri mu buyinza." }, { "english": "The governor has warned financial institutions against charging high-interest rates on their customers.", "luganda": "Gavumenti erabudde ebitongole bya ssente okwewala okusaba bakasitoma baago amagoba amangi ." }, { "english": "I missed today's lunchtime news.", "luganda": "Amawulire agasomebwa mu kiseera ky'amalya g'eky'emisana gampiseeko." }, { "english": "The federation has greatly improved the standard of sports in the country.", "luganda": "Ekitongole kirinnyisizza nnyo omutindo gw'eby'emizannyo mu ggwanga." }, { "english": "Our national team riders still need more skills to perform better in the championship.", "luganda": "Ttiimu yaffe ey'abavuzi b'obugaali ekyetaaga okukuguka esobole okuvuganya mu mpaka za championship." }, { "english": "The federation expects an increase in the number of riders next year.", "luganda": "Ekitongole kisuubira nti omuwendo gw'abavuzi b'obugaali gujja kweyongera omwaka ogujja." }, { "english": "Many international riders are set to compete in this race.", "luganda": "Abavuzi b'obugaali bangi okuva mu mawanga ag'enjawulo bajja kwenyigira mu mpaka ezo." }, { "english": "Most of the government hospital buildings in the country need to be renovated.", "luganda": "Ebizimbe by'amalwaliro ga gavumenti ebisinga obungi byetaaga okudaabirizibwa." }, { "english": "The government used the loan to construct the school in our town council.", "luganda": "Gavumenti yakozesa ssente ze yeewola okuzimba essomero mu kitundu kyaffe." }, { "english": "The long period of war greatly damaged the northern part of the country.", "luganda": "Olutalo olwamala ekiseera kiwanvu mu bukiikakkono bw'eggwanga bwakosa nnyo ekitundu ekyo." }, { "english": "The youth have acquired skills to enable them to create jobs.", "luganda": "Abavubuka bafunnye obukugu obubasobozesa okwetandikirawo emirimu." }, { "english": "The training has improved the lives of many young people in our community.", "luganda": "Okutendekebwa kusitudde omutindo gw'obulamu bw'abavubuka bangi mu kitundu kyaffe." }, { "english": "Prices of cement keep on changing from time to time.", "luganda": "Ebbeeyi ya seminti ekyukakyuka buli kiseera." }, { "english": "How much is a sack of cement?", "luganda": "Akasawo ka seminti kagula mmeka?" }, { "english": "Poor nutrition during pregnancy hinders the development of the unborn child.", "luganda": "Omukazi ali olubuto bw'atalya bulungi kikosa enkula y'omwana ali mu lubuto." }, { "english": "It is very important for expectant mothers to go for antenatal care.", "luganda": "Kikulu nnyo abakazi abali embuto okugendanga mu ddwaliro okukeberebwa." }, { "english": "There is an increase in the number of maternal deaths.", "luganda": "Omuwendo gw'abakazi abafa nga bazaala gweyongedde." }, { "english": "She was thrown out of the house at midnight.", "luganda": "Yagobwa mu nnyumba ku ssaawa mukaaga ogw'ekiro." }, { "english": "The residents got annoyed with the group which destroyed people's houses.", "luganda": "Abatuuze baanyigira nnyo abantu abaamenya amayumba g'abantu." }, { "english": "There was a doctor who claimed ownership of that land.", "luganda": "Waliwo omusawo eyali agamba nti ye nnannyini ttaka." }, { "english": "The priest urged people to promote peace and harmony in their communities.", "luganda": "Omubuulizi yakubirizza abantu okukuuma emirembe n'obumu mu bitundu byabwe." }, { "english": "This was announced by the minister.", "luganda": "Ekyo minisita ye yakirangirira." }, { "english": "He is the one behind the whole plan.", "luganda": "Y'ali emabega w'enteekateeka yonna." }, { "english": "He is not fluent in English.", "luganda": "Tayogera bulungi Lungereza." }, { "english": "The examination was very tiresome.", "luganda": "Ebigezo byabadde bikooya nnyo." }, { "english": "He accused him of grabbing land.", "luganda": "Yamulumiriza okubba ettaka." }, { "english": "Some senior politicians advised the leader about the ongoing land issue.", "luganda": "Abamu ku abo abaludde mu by'obufuzi baawa abakulembeze amagezi ku nsonga y'ettaka eriwo." }, { "english": "We have got all the details in a report.", "luganda": "Kalonda yenna ali mu alipoota." }, { "english": "The leaders have lost trust in one another.", "luganda": "Abakulembeze tebakyesigangana." }, { "english": "The president made a phone call to the bishop yesterday.", "luganda": "Pulezidenti yakubidde ssaabalabirizi essimu jjo." }, { "english": "The leaders are trying to settle the disagreement amongst themselves.", "luganda": "Abakulembeze bagezaako okugonjoola obutakkaanya obuliwo wakati waabwe." }, { "english": "The soldier died while saving his injured colleague.", "luganda": "Omusirikale yafa ng'agezaako okutaasa munne eyali afunye ebisago." }, { "english": "The official said that only four soldiers were killed in the attack.", "luganda": "Omukungu wa gavumenti yagambye nti abasirikale bana bokka be baafiira mu bulumbaganyi obwo." }, { "english": "Many of our soldiers sustained serious injuries during the attack.", "luganda": "Bangi ku basirikale baffe baafuna ebisago eby'amaanyi mu bulumbaganyi obwo." }, { "english": "The number of deaths continues to rise each day.", "luganda": "Omuwendo gw'abafa gweyongera okulinnya buli lunaku." }, { "english": "I have to watch the nine o'clock news from home.", "luganda": "Amawulire g'oku ssaawa essatu nnina kugalabira waka." }, { "english": "Most of the national team players come from our home village.", "luganda": "Abazannyi abasinga obungi abali ku ttiimu y'eggwanga bava ku kyalo kyaffe." }, { "english": "The sports council has identified more young stars to join the national team.", "luganda": "Akakiiko k'eby'emizannyo kazuddeyo bamusaayi muto abalala abalina ekitone ab'okwegatta ku ttiimu y'eggwanga." }, { "english": "The footballer had an interview with a known sports journalist.", "luganda": "Munnamawulire w'eby'emizannyo omututumufu yabuuza omusambi w'omupiira oyo ebibuuzo." }, { "english": "In our country golf is mostly played by rich people.", "luganda": "Mu nsi yaffe omuzannyo gwa golf gusinga kuzannyibwa bagagga." }, { "english": "The winners were rewarded with trophies and money.", "luganda": "Abaawangudde baabawadde ebikopo ne ssente." }, { "english": "Mbale town is very congested.", "luganda": "Ekibuga kya Mbale kya mugotteko." }, { "english": "The streets in the city center are crowded with street vendors.", "luganda": "Enguudo z'omu kibuga zijjudeko abatembeeyi b'oku nguudo." }, { "english": "How do I start an oil and gas business in our country?", "luganda": "Nnyinza ntya okutandika bizineesi y'amafuta ne gaasi mu gwanga lyaffe?" }, { "english": "There is competition amongst the different oil companies.", "luganda": "Waliwo okuvuganya wakati wa kampuni z'amafuta ez'enjawulo." }, { "english": "There are four legal mining companies in Northern Uganda.", "luganda": "Mu bukiikakkono bwa Uganda waliyo kampuni nnya entongole ezisima eby'obugagga eby'omuttaka." }, { "english": "Livestock farmers in Northern Uganda rear local breeds.", "luganda": "Abalunzi mu bukiikakkono bwa Uganda balunda bisolo eby'olulyo olunnansi." }, { "english": "He told us everything about you.", "luganda": "Yatubuulira byonna ebikukwatako." }, { "english": "This town is very disorganized.", "luganda": "Ekibuga kikyankalamu." }, { "english": "The residents live in continuous fear of criminals.", "luganda": "Abatuuze basiiba mu kutya." }, { "english": "Kampala is one of the highly populated cities in Africa.", "luganda": "Kampala kye kimu ku bibuga ebisingayo okubaamu abantu mu Afirika." }, { "english": "Many people in the city are homeless.", "luganda": "Ekibuga kirimu abantu bangi abatalina wa kusula." }, { "english": "Currently some businesses in the city are closed because of the pandemic.", "luganda": "Kati bizineesi ezimu mu kibuga nzigale olw'ekirwadde." }, { "english": "She will always be remembered for her great contribution to the country.", "luganda": "Ajja kujjukirwanga olw'ebirungi bye yakolera eggwanga." }, { "english": "He died in the year two thousand thirteen.", "luganda": "Yafa mu nkumi bbiri kumi na ssatu." }, { "english": "Their death was very terrifying.", "luganda": "Bafiira mu ntiisa." }, { "english": "It's quite rare for someone to be struck by lightning.", "luganda": "Si kya bulijjo omuntu okukubwa laddu." }, { "english": "It has been raining every day.", "luganda": "Enkuba ebadde etonnya buli lunaku." }, { "english": "I have to watch today's nine o'clock news from home.", "luganda": "Amawulire g'essaawa essatu nnina kugalabira waka." }, { "english": "The chairman apologized to the committee for his recent bad conduct.", "luganda": "Ssentebe yeetondedde abantu olw'engeri embi gye yeeyisaamu gye buvuddeko awo." }, { "english": "Politicians should be on good terms with their counterparts.", "luganda": "Bannabyabufuzi basaanidde okukolagana obulungi ne bannaabwe." }, { "english": "The president is the chief commander of the national army.", "luganda": "Pulezidenti ye muduumizi ow'oku ntikko ow'eggye ly'eggwanga." }, { "english": "The army protects people's lives and property.", "luganda": "Amagye gakuuma obulamu bw'abantu n'ebintu byabwe." }, { "english": "Some people cut trees for charcoal burning.", "luganda": "Abantu abamu batema emiti kukola manda." }, { "english": "Unclear land boundaries cause a lot of conflicts in the country.", "luganda": "Ensalo ezitalambiddwa bulungi zireetawo entalo z'ettaka nnyingi mu ggwanga." }, { "english": "This report was released last year in December.", "luganda": "Alipoota eno yafulumizibwa mu Ddesemba w'omwaka oguwedde." }, { "english": "The biggest part of Kampala city is in Buganda kingdom.", "luganda": "Ekitundu ekisinga obunene eky'ekibuga Kampala kiri mu bwakabaka bwa Buganda." }, { "english": "Sincerely the city needs to be expanded because it is over congested.", "luganda": "Mazima ekibuga kyetaaga okugaziyizibwa kubanga kirimu omugotteko mungi." }, { "english": "On many occasions soldiers have been deployed in different foreign countries.", "luganda": "Emirundi mingi abasirikale bayunguddwa mu mawanga g'ebweru agatali gamu." }, { "english": "Many countries have experienced terrorist attacks in Africa.", "luganda": "Amawanga mangi mu Afirika galumbiddwa abatujju." }, { "english": "I will make the report at the end of this week.", "luganda": "Alipoota nja kugikola ku nkomerero ya wiiki eno." }, { "english": "The religious leader was not injured during the attack.", "luganda": "Omukulembeze w'eddiini teyakoseddwa mu bulumbaganyi." }, { "english": "Christians are wondering why their leader was attacked.", "luganda": "Abakristaayo beebuuza ensonga lwaki omukulembeze waabwe yalumbiddwa." }, { "english": "The culprit was arrested instantly.", "luganda": "Omuzi w'omusango yakwatiddwa mangu ddala." }, { "english": "Everything happened in the presence of journalists.", "luganda": "Byonna byabaddewo nga munnamawulire alaba." }, { "english": "This is one of the biggest markets in the capital city.", "luganda": "Kano ke kamu ku butale obusingayo obunene mu kibuga ekikulu." }, { "english": "Christians celebrate the resurrection of Jesus Christ on Easter Sunday.", "luganda": "Ku Ppaasika Abakristaayo baba bakuza mazuukira ga Yesu Kristo." }, { "english": "The roman catholic priests are not allowed to marry.", "luganda": "Abakulu b'eddiini y'Obukatuliki tebakkirizibwa kuwasa." }, { "english": "The church leader preached a gospel of reconciliation and forgiveness last Sunday.", "luganda": "Ku Ssande omukulembeze w'eddiini yabuulidde njiri ya kutabagana na kusonyiwagana." }, { "english": "Some schools have only boys.", "luganda": "Waliwo amasomero nga galimu balenzi bokka." }, { "english": "Some African countries have lost many people to coronavirus.", "luganda": "Ensi za Afirika ezimu zirina abantu bangi abafudde ekirwadde kya Korona." }, { "english": "Peace talks help in solving political conflicts in the country.", "luganda": "Enteeseganya ez'emirembe ziyamba mu kugonjoola entalo z'eby'obufuzi mu ggwanga." }, { "english": "The government has put much emphasis on the security of all citizens.", "luganda": "Gavumenti etadde amaanyi mangi mu kukuuma abatuuze." }, { "english": "The constitution guides us well in all that we plan to do.", "luganda": "Ssemateeka atulungamya mu byonna bye tuba tuteekateeka okukola." }, { "english": "We are still waiting for the investigation report from the police.", "luganda": "Tukyalindirira lipoota evudde mu kunoonyereza kwa poliisi." }, { "english": "They have hired a private investigator to find out the truth behind the robbery.", "luganda": "Bapangisizza omunoonyereza owaabwe ku bwabwe okunoonyereza ku bubbi obwo." }, { "english": "Private investigators are very expensive.", "luganda": "Abanoonyereza abapangisiddwa basaba ssente nnyingi nnyo." }, { "english": "Leaders should show a good example to their subjects.", "luganda": "Abakulembeze basaanidde okuteerawo be bakulembera ekyokulabirako ekirungi." }, { "english": "The church leader has called upon Ugandans to live peacefully with others.", "luganda": "Omukulembeze w'eddiini akubirizza Bannayuganda okukolagana mu mirembe." }, { "english": "The kidnappers always target rich people's children.", "luganda": "Abawamba abaana batera kuwamba baana ba bagagga ." }, { "english": "Many people deliberately refuse to pay taxes.", "luganda": "Waliwo abantu bangi abagaana obugaanyi okusasula omusolo." }, { "english": "Motorcycles are very convenient for business people.", "luganda": "Pikipiki ziyamba nnyo abakozi ba bizineesi." }, { "english": "The village council treasurer attacked the chairman for being tribalistic.", "luganda": "Akuuma ensawo y'ekyalo yalumiriza ssentebe nti musosoze." }, { "english": "The judge did not appear for today's court session.", "luganda": "Omulamuzi teyalabise mu kkooti." }, { "english": "The judge instructed us to come with our witnesses in the next court session.", "luganda": "Omulamuzi yatulagidde okujja n'abajulizi baffe mu lutuula lwa kkooti oluddako." }, { "english": "Political parties need enough funds to facilitate the smooth flow of their plans.", "luganda": "Ebibiina by'obufuzi biba byetaaga ssente ezimala okusobola okuddukanya emirimu gyabyo." }, { "english": "Uganda hosted the commonwealth summit in two thousand seven.", "luganda": "Mu nkumi bbiri mu musanvu Uganda yakyaza olukungaana lw'amawanga agaaliko amatwale ga Bungereze." }, { "english": "Most of the sports journalists in Uganda are males.", "luganda": "Bannamawulire b'eby'emizannyo abasinga obungi mu Uganda basajja." }, { "english": "The journalist has given us all the information concerning our national team.", "luganda": "Munnamawulire atubuulidde byonna ebikwata ku ttiimu yaffe ey'eggwanga." }, { "english": "He is one of the best athletes in the country.", "luganda": "Y'omu ku baddusi abasinga obulungi mu ggwanga." }, { "english": "Football is one of the most exciting sport to watch.", "luganda": "Omuzannyo gw'omupiira gwe gumu ku mizannyo egisinga okunyuma okulaba." }, { "english": "The president is very concerned about the security in the country.", "luganda": "Pulezidenti afaayo nnyo ku by'okwerinda by'eggwanga." }, { "english": "My cousin is one of the best news anchors in the country.", "luganda": "Ow'enganda zange y'omu ku basomi b'amawulire abasinga obulungi mu ggwanga." }, { "english": "Some universities did not participate in last year's sports tournament.", "luganda": "Yunivasite ezimu tezeenyigira mu mizannyo gy'omwaka oguwedde." }, { "english": "We won twenty gold medals in last year's sports competitions.", "luganda": "Twawangula emidaali gya zzaabu makumi abiri mu mpaka z'omwaka oguwedde." }, { "english": "This year's football league kicks off next week.", "luganda": "Liigi y'omupiira ey'omwaka guno etandika wiiki ejja." }, { "english": "The sports committee has included new games in the upcoming championship.", "luganda": "Akakiiko k'eby'emizannyo empaka ezijja kazongeddemu emizannyo emirala." }, { "english": "Cassava flour is good for porridge.", "luganda": "Akawunga ka muwogo kalungi okufumbamu obuugi." }, { "english": "The ministry of agriculture gave out quality seeds to rural farmers last month.", "luganda": "Minisitule y'eby'obulimi yawa abalimi b'omu byalo ensigo ennungi omwezi oguwedde." }, { "english": "The people are now happy about having a representative.", "luganda": "Kati abantu basanyufu okuba n'abakiise." }, { "english": "He spoke to a journalist about his journey as the head of the unit.", "luganda": "Yabuulira bannamawulire ku kiseera kye yamala nga y'akulira ekibinja." }, { "english": "The former custodian declined to take over the national team.", "luganda": "Eyaliko omubaka yagaana okukulira ttiimu y'eggwanga." }, { "english": "He said that during an interview on television.", "luganda": "Ekyo yakyogera bwe baali bamubuuza ebibuuzo ku ttivi." }, { "english": "They received items to help them survive.", "luganda": "Baafuna ebintu ebyandibayambye okuwonawo." }, { "english": "The Ministry of health forewarned against violation of the standard operating procedures.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulamu kyalabula abantu ku kumenya ebiragiro eby'okugoberera ebyassibwawo." }, { "english": "They elected a new Chairperson and Vice-Chairperson.", "luganda": "Baalonda ssentebe n'omumyuka wa ssentebe omupya." }, { "english": "They refused the opportunity.", "luganda": "Baagaana." }, { "english": "He left the meeting in total anger.", "luganda": "Yava mu lukungaana nga musunguwavu nnyo." }, { "english": "They criticized the abrupt lockdown that kept them at home.", "luganda": "Baavumirira nnyo eky'okussaawo omuggalo ogwabasibira awaka nga tebasoose kubalabula." }, { "english": "They are needy and they should be helped.", "luganda": "Bali mu bwetaavu era basaanidde okuyambibwa." }, { "english": "They were warned against using personal data to determine vulnerability.", "luganda": "Baalabulwa ku butakozesa ddata owaabwe ku bwabwe okusalawo b'ani abayinza okukosebwa ennyo." }, { "english": "The people in the villages keep coming to the city in search of jobs.", "luganda": "Abantu b'omu byalo beeyongera okujja mu bibuga okunoonya emirimu." }, { "english": "This is the fourth day of lockdown.", "luganda": "Luno lunaku lwakuna olw'omuggalo." }, { "english": "The culprits claim to be in need.", "luganda": "Abazzi b'emisango bagamba nti bali mu bwetaavu." }, { "english": "The law enforcers paid a deaf ear to their requests.", "luganda": "Abakwasisa amateeka tebaawuliriza kusaba kwabwe." }, { "english": "The leaders decided to join forces to fight the deadly virus.", "luganda": "Abakulembeze baasalawo okukolera awamu okulwanyisa ekirwadde ekyo eky'obulabe." }, { "english": "The public has been cautioned against taking the directives lightly.", "luganda": "Abantu balabuddwa ku kwewala okutwala ebintu ng'eby'olusaago." }, { "english": "Some people have chosen to ignore the set restrictions.", "luganda": "Abantu abamu basazeewo okusambajja ebiragiro ebyassibwawo." }, { "english": "They no longer have oxygen in the hospital.", "luganda": "Amalwaliro tegakyalina mukka gwa oxygen." }, { "english": "They do not have enough resources.", "luganda": "Tegalina bikozesebwa bimala." }, { "english": "The qualifications for the senior citizens' grant are to remain the same.", "luganda": "Ebisaanyizo bya bannamukadde ab'okuweebwa ssente bisigadde bye bimu." }, { "english": "The focus is now on their representatives.", "luganda": "Kati amaaso bagatadde ku babaka baabwe." }, { "english": "Those taking advantage of the sick have been revealed.", "luganda": "Abo abakamula ssente mu balwadde babaanise." }, { "english": "They should no longer be allowed to operate.", "luganda": "Balina okuggalwa." }, { "english": "The discovery left many surprised.", "luganda": "Ekyazuulwa kyayanaamiriza bangi." }, { "english": "The oil tunnels are deep.", "luganda": "Emikutu gy'amafuta miwanvu." }, { "english": "This discovery occurred while digging a pit latrine.", "luganda": "Baakizuula basima kinnya kya kaabuyonjo." }, { "english": "The government distributed food during the first lockdown.", "luganda": "Gavumenti yawa abantu emmere mu muggalo ogwasooka." }, { "english": "The government intends to provide cash relief in the second lockdown.", "luganda": "Mu muggalo ogw'okubiri gavumenti eteekateeka kuwa bantu ssente." }, { "english": "Many teenagers were impregnated during the lockdown.", "luganda": "Abawala bangi abatiini baafuna embuto mu muggalo." }, { "english": "There is an increase in the spread of the virus.", "luganda": "Ekirwadde kyeyongedde okusaasaana." }, { "english": "Those vaccinated have not been spared.", "luganda": "N'abaagemwa nabo bubakwata." }, { "english": "Animations have been used to communicate ideas.", "luganda": "Katuuni zikozeseddwa okubangula abantu." }, { "english": "The new system could cost millions of shillings.", "luganda": "Enkola empya eyinza okutwala obukadde n'obukadde bwa ssente." }, { "english": "Despite its benefits the tracking system is a risky venture.", "luganda": "Wadde ng'erina emigaso enkola eyo ey'okulondoola eyinza okuvaamu obuzibu." }, { "english": "She was late for the interview.", "luganda": "Yatuuka kikeerezi okubuuzibwa ebibuuzo." }, { "english": "The high number of people passing on could lead to mental disorders among many.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu abangi abafa guyinza okuviirako abantu bangi okufuna endwadde z'omutwe." }, { "english": "So far many people have died of that disease.", "luganda": "Ekirwadde ekyo kisse abantu bangi." }, { "english": "They narrated their nightmare tearfully.", "luganda": "Baayogera ku kutulugunyizibwa okwabatuusibwako nga bwe battulukuka amaziga." }, { "english": "They called for changes in the prisons.", "luganda": "Baasaba amakomera gakolebwemu enkyukakyuka." }, { "english": "Those responsible said that they did nothing wrong.", "luganda": "Abo abavunaanyizibwa baagamba nti tebalina kikyamu kye baakola." }, { "english": "There has been a rise in the number of cases.", "luganda": "Abantu abakwatibwa obulwadde beeyongedde." }, { "english": "All sorts of measures are being used to save lives.", "luganda": "Buli kimu ekisoboka kikolebwa okutaasa obulamu bw'abantu." }, { "english": "The public has been challenged to stay calm.", "luganda": "Abantu bakubiriziddwa okusigala nga bakkakkamu." }, { "english": "It is not true that everyone has been vaccinated.", "luganda": "Abantu bonna tebannaba kugemebwa." }, { "english": "The increased demand for oxygen has forced the hospital to seek alternative sources.", "luganda": "Obwetaavu bw'omukka gwa oxygen obweyongedde buleetedde amalwaliro okumunoonya ne mu bifo ebirala." }, { "english": "They should cut down on their expenses.", "luganda": "Blina okukendeeza ku nsaasaanya yaabwe." }, { "english": "They did not agree with budgetary allocations.", "luganda": "Si bamativu na ngabanya ya bajjeti." }, { "english": "Parents accused school authorities of deliberately hiding infections among children.", "luganda": "Abazadde baalumiriza abakulu b'amasomero okukweka mu bugenderevu abaana abalwadde." }, { "english": "Details of the results have been revealed.", "luganda": "Ebyavuddemu bimanyisiddwa." }, { "english": "The new leaders have been revealed.", "luganda": "Abakulembeze abapya bamanyisiddwa." }, { "english": "He will make sure that everyone follows the rules.", "luganda": "Ajja kukakasa nti buli omu agoberera ebiragiro." }, { "english": "She welcomed them on the team.", "luganda": "Yabaaniriza ku ttiimu." }, { "english": "The race has revealed the cracks in the opposition.", "luganda": "Okuvuganya kulaze ebituli mu ludda oluvuganya." }, { "english": "People should not be worried.", "luganda": "Abantu tebasaanidde kweraliikirira." }, { "english": "She was accused of disobeying the committee.", "luganda": "Baamulumiriza olw'okujeemera akakiiko." }, { "english": "It is good to apologize when in wrong.", "luganda": "Kirungi okwetonda ng'okoze ensobi." }, { "english": "The election exercise is set to begin.", "luganda": "Okulonda kugenda kutandika." }, { "english": "What more do they have to offer?", "luganda": "Kipya ki kye balina?" }, { "english": "Parliament resumes next month.", "luganda": "Paliyamenti eddamu okutuula omwezi ogujja." }, { "english": "They will have to choose sides.", "luganda": "Balina okulonda oludda." }, { "english": "They blocked him from accessing the offices.", "luganda": "Baamugaanye okuyingira ofiisi." }, { "english": "They did not like the food.", "luganda": "Emmere tebaagyagadde." }, { "english": "There will be prayers.", "luganda": "Wajja kubaawo okusaba." }, { "english": "There is a lot of fake news.", "luganda": "Waliwo amawulire mangi ag'obulimba." }, { "english": "There are so many police officers.", "luganda": "Waliwo abapoliisi bangi." }, { "english": "The build-up to the inauguration ceremony is taking shape.", "luganda": "Enteekateeka z'omukolo ogw'okutongoza zitambula bulungi." }, { "english": "The army is preparing for war.", "luganda": "Eggye lyetegekera lutalo." }, { "english": "It is good to be honest every day.", "luganda": "Kikulu okuba ow'amazima buli lunaku." }, { "english": "There is a need for improvement.", "luganda": "Waliwo ebyetaaga okulongoosebwamu." }, { "english": "They expect to get the proper care.", "luganda": "Basuubira okufiibwako obulungi." }, { "english": "The services are not good enough.", "luganda": "Empeereza si nnungu kimala." }, { "english": "The money in her bank account has been reduced.", "luganda": "Ssente z'alina mu bbanka zikendedde." }, { "english": "Several factors led to a fall in the budget.", "luganda": "Waliwo ebintu ebitali bimu ebyaviirako bajeti okwesala." }, { "english": "They deserved a break from all the school work.", "luganda": "Baali beetaaga okufunayo oluwummula olw'emirimu emingi gye bakola ku ssomero." }, { "english": "The list of beneficiaries has grown.", "luganda": "Abeetaaga okuweebwa ssente beeyongedde." }, { "english": "They should remain at home during the lockdown.", "luganda": "Balina kusigala waka mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "They should wait a bit before leaving home.", "luganda": "Balina okugira nga balindako nga tebannava waka." }, { "english": "Many young people are being infected.", "luganda": "Abavubuka bangi nabo obulwadde bubakwata." }, { "english": "They are many sick people in the hospital.", "luganda": "Abalwadde bangi mu malwaliro." }, { "english": "Many people are against police brutality.", "luganda": "Abantu bangi bavumirira obukambwe poliisi bw'ekozesa ku bantu." }, { "english": "The year has been full of joy.", "luganda": "Omwaka gubaddemu ebisanyusa bingi." }, { "english": "There is a lot of freedom in Arua.", "luganda": "Mu Arua mulimu eddembe lingi." }, { "english": "Everything that took place during the polls has been revealed.", "luganda": "Buli kimu ekyaliwo mu kulonda kimanyisiddwa." }, { "english": "The situation has left the residents confused.", "luganda": "Embeera eyo erese abatuuze nga batabuddwa." }, { "english": "Many people have been killed as well.", "luganda": "Abantu bangi battiddwa." }, { "english": "Several people have lost their lives.", "luganda": "Abantu abawerako bafiiriddwa obulamu bwabwe." }, { "english": "It is among the most important offices in the country.", "luganda": "Y'emu ku ofiisi ezisinga obukulu mu ggwanga." }, { "english": "They refused to make the requested changes in the proposal.", "luganda": "Ekiteeso baagaana okukikolamu enkyukakyuka nga bwe baali babagambye." }, { "english": "They did not accept the new changes.", "luganda": "Tebakkiriza nkyukakyuka mpya." }, { "english": "They will take an oath of office.", "luganda": "Bajja kulayizibwa okutwala ofiisi." }, { "english": "The ruling party is still dominant.", "luganda": "Ekibiina ekiri mu buyinza kikyali kya maanyi." }, { "english": "There is a new face of opposition.", "luganda": "Oludda oluvuganya lweyubudde." }, { "english": "I do not know what lies ahead for primary school children.", "luganda": "Simanyi kiddako eri abaana abali mu pulayimale." }, { "english": "The district registered new cases of the deadly virus.", "luganda": "Disitulikit yafunye abantu abalala abaakwatiddwa ekirwadde ekikambwe." }, { "english": "A recovery plan is underway.", "luganda": "Pulaani ey'okutereeza ebintu egenda mu maaso." }, { "english": "Some courses were removed.", "luganda": "Amasomo agamu gaggiddwawo." }, { "english": "They sought assistance elsewhere.", "luganda": "Obuyambi baabunoonyeza walala." }, { "english": "The fisherman was rescued by the police.", "luganda": "Poliisi ye yataasizza abavubi." }, { "english": "The coronavirus nineteen funds were misused.", "luganda": "Sente za korona zakozesebwa buubi." }, { "english": "Whoever is found guilty will be punished.", "luganda": "Buli asingisibwa omusango ajja kubonerezebwa." }, { "english": "Some students cheat in examinations.", "luganda": "Abayizi abamu babba ebibuuzo." }, { "english": "Most of the students didn't receive their results.", "luganda": "Abayizi abasinga obungi ebigezo byabwe tebyakomawo." }, { "english": "She will give us all the details.", "luganda": "Ajja kutubuulira kalonda yenna." }, { "english": "His lawyers were not allowed to see him.", "luganda": "Bannamateeka be tebaabakkiriza kumulaba." }, { "english": "The organization carries out special operations.", "luganda": "Ekitongole ekyo kikola ebikwekweto eby'enjawulo." }, { "english": "He is very hard working.", "luganda": "Mukozi munyiikivu." }, { "english": "He is working hard to join the team.", "luganda": "Akola na maanyi okwegatta ku ttiimu." }, { "english": "Other players joined the team.", "luganda": "Abazannyi abalala beegasse ku ttiimu." }, { "english": "They all have different responsibilities on the team.", "luganda": "Bonna balina obuvunaanyizibwa bwa njawulo ku ttiimu." }, { "english": "Registering a business is a very long process.", "luganda": "Okuwandiisa bizineesi kirimu emisoso mingi." }, { "english": "It is now simple and easy to register a business.", "luganda": "Kati kyangu okuwandiisa bizineesi." }, { "english": "People have been encouraged to start-up businesses.", "luganda": "Abantu bakubiriziddwa okutandikawo bizineesi." }, { "english": "He was accused of illegally selling the land.", "luganda": "Avunaanibwa gwa kutunda ttaka mu ngeri emenya amateeka." }, { "english": "Most people are not following the rules.", "luganda": "Abantu abasinga obungi tebagoberera mateeka." }, { "english": "They did not accept the test results.", "luganda": "Tebakkirizza byavudde mu kukebera." }, { "english": "The pending court cases are too many.", "luganda": "Emisango kkoiti gy'etannamaliriza mingi nnyo." }, { "english": "There wasn't enough evidence to prove that he was guilty.", "luganda": "Tewaali bukakafu bumala bulaga nti yazza omusango." }, { "english": "Only one of the expected witnesses showed up.", "luganda": "Omujulizi omu yekka ku baali basuubirwa ye yalabikako." }, { "english": "He was accused of other crimes.", "luganda": "Yavunaanibwa n'emisango emirala." }, { "english": "Something should be done to stop schools from cheating in examinations.", "luganda": "Wasaanidde okubaawo ekikolebwawo okulemesa amasomero okubba ebigezo." }, { "english": "Some schools receive the papers before exams are held.", "luganda": "Amasomero agamu gafuna ebigezo nga bukyali." }, { "english": "People have been advised to start saving money for their future.", "luganda": "Abantu bakubiriziddwa okutandika okuterekawo ssente ezinaabayamba mu biseera eby'omu maaso." }, { "english": "People need to prepare for their retirement.", "luganda": "Abantu beetaaga okwetegekera ebiseera eby'okuwummula emirimu." }, { "english": "They are planning a strike.", "luganda": "Bategeka akeediimo." }, { "english": "The leader informed the public.", "luganda": "Omukulembeze yategeezezza abantu." }, { "english": "Introducing a law about mental health is not a good idea.", "luganda": "Okuteekawo etteeka erikwata ku bulwadde bw'obwongo si kya magezi." }, { "english": "The suspect has been sent to prison.", "luganda": "Ateeberezebwa asindikiddwa mu kkomera." }, { "english": "He admitted his crimes.", "luganda": "Yakkiriza emisango." }, { "english": "He borrowed a lot of money from the bank.", "luganda": "Yeewola ssente nnyingi mu bbanka." }, { "english": "He was accused of other illegal actions.", "luganda": "Yavunaanibwa n'emisango emirala." }, { "english": "Many students were happy with their results.", "luganda": "Abayizi bangi baasanyukidde ebyavudde mu bigezo byabwe." }, { "english": "The overall performance in the final exams was not good across the country.", "luganda": "The overall performance in the final exams was not good across the country." }, { "english": "He will not be punished for misusing funds.", "luganda": "Tajja kubonerezebwa olw'okukozesa obubi ssente." }, { "english": "Another office will handle the issue.", "luganda": "Ofiisi endala ejja kukola ku nsonga eyo." }, { "english": "Some districts had schools with very poor results.", "luganda": "Amasomero mu disitulikiti ezimu gaakoze bubi nnyo." }, { "english": "Most of the students who sat for the examinations were from public schools.", "luganda": "Abayizi abasinga obungi abaatuula ebigezo baali mu masomero ga gavumenti." }, { "english": "Boys passed the examinations highly.", "luganda": "Abalenzi baayitidde waggulu." }, { "english": "Many students failed the English exam.", "luganda": "Abayizi bangi baagudde ebigezo by'Olungereza." }, { "english": "Private schools had very good results.", "luganda": "Amasomero g'obwa nnannyini gaakoze bulungi nnyo." }, { "english": "He promised to ensure the safety of the citizens.", "luganda": "Yasuubizza okukakasa nti abatuuze bakuumibwa." }, { "english": "People should think of ways of making money.", "luganda": "Abantu basaanidde okulowooza ku ngeri gye bayinza okukolamu ssente." }, { "english": "People can now use their phones to pay taxes.", "luganda": "Abantu kati basobola okusasulira emisolo ku masimu gaabwe." }, { "english": "Everyone should pay taxes.", "luganda": "Buli omu alina okusasula omusolo." }, { "english": "The disabled can succeed in life.", "luganda": "Abalina obulemu basobola okutuuka ku buwanguzi mu bulamu." }, { "english": "She made a decision that surprised many people.", "luganda": "Kye yasalawo kyewuunyisa bangi." }, { "english": "She is earning money from motorcycles.", "luganda": "Afuna ssente mu pikipiki." }, { "english": "They now fight to protect people.", "luganda": "Kati balwana kukuuma bantu." }, { "english": "They no longer have to fight.", "luganda": "Tebakyetaaga kulwana." }, { "english": "Some schools may not open for the new term.", "luganda": "Amasomero agamu gayinza obutaggulawo." }, { "english": "The prices of fuel may keep increasing.", "luganda": "Emiwendo gy'ebbeeyi y'amafuta giyinza okusigala nga gyeyongera." }, { "english": "The prices had been low for a while.", "luganda": "Emiwendo gibadde wansi okumala ekiseera." }, { "english": "The forces have finished preparing for the event.", "luganda": "Amagye gamaze okwetegekera omukolo." }, { "english": "Some departments are suspected to have worked with the culprits.", "luganda": "Ebitongole ebimu biteeberezebwa okuba nga byakolaganira wamu n'abazzi b'emisango." }, { "english": "All the commanders will be questioned.", "luganda": "Abaduumizi bonna bajja kubuuzibwa ebibuuzo." }, { "english": "Those who were hurt by the suspects will be investigated.", "luganda": "Abo abaakosebwa abateeberezebwa okuzza emisango bajja kunoonyerezebwako." }, { "english": "This is what is happening now.", "luganda": "Kino kye kigenda mu maaso kati." }, { "english": "Fuel is now expensive for the riders.", "luganda": "Kati bbeeyi y'amafuta ezitooweredde abavuzi ba pikipiki." }, { "english": "The prices are not reducing anytime soon.", "luganda": "Kirabika ebbeeyi y'amafuta egenda kusigala waggulu okumala ekiseera." }, { "english": "Living without a job is scary to some people.", "luganda": "Abantu abamu kibatiisa nnyo okubeerawo nga tebalina mulimu." }, { "english": "Only those with savings can happily leave their jobs.", "luganda": "Abo bokka abalina kye baaterekawo be batera okuleka emirimu nga basanyufu." }, { "english": "Many people have benefited from their savings.", "luganda": "Abantu bangi baganyuddwa mu ssente ze baatereka." }, { "english": "They want to provide easy access to health services.", "luganda": "Baagala basobozese abantu okwanguyirwa okufuna obujjanjabi." }, { "english": "Some people discover that they have health issues when it is too late.", "luganda": "Abantu abamu obulwadde babuzuula obudde buyise." }, { "english": "There are many patients battling cancer in the hospitals.", "luganda": "Abalwadde ba kookolo bangi mu malwaliro." }, { "english": "What is going to happen to his partner?", "luganda": "Kiki ekinaatuuka ku munne?" }, { "english": "They were blamed for not visiting him while he was in the hospital.", "luganda": "Baabanenya olw'obutamulambula ng'ali mu ddwaliro." }, { "english": "They will keep making music.", "luganda": "Bajja kweyongera okufulumya ennyimba." }, { "english": "The drivers who were found breaking the rules were arrested.", "luganda": "Abagoba b'ebidduka abaali bamenya amateeka baakwatibwa." }, { "english": "The roads are under heavy supervision.", "luganda": "Amakubo galawunwa nnyo." }, { "english": "The area is out of bounds.", "luganda": "Ekifo ekyo tekikkirizibwamu bantu." }, { "english": "The action will yield negative results.", "luganda": "Ebinaava mu kikolwa ekyo tebijja kuba birungi." }, { "english": "The district has a new water facility.", "luganda": "Disituliki kati erina eby'amazzi ebipya." }, { "english": "They did a lot of work around the area.", "luganda": "Baakola omulimu munene mu kitundu." }, { "english": "They took part in the hospital's activities.", "luganda": "Beenyigira mu mirimu gy'eddwaliro." }, { "english": "The reporter has the records.", "luganda": "Omusasi alina ebiwandiiko." }, { "english": "Few people are living in the country.", "luganda": "Eggwanga eryo lirimu abantu batono." }, { "english": "Many people ran away from the country.", "luganda": "Abantu bangi badduka mu ggwanga." }, { "english": "The country is home to many displaced people.", "luganda": "Abanoonyi b'obubudamu bangi baddukidde mu ggwanga lino." }, { "english": "The elections have been postponed.\"", "luganda": "Okulonda kwongezeddwayo." }, { "english": "The information was received late.", "luganda": "Obubaka baabufunye obudde buyise." }, { "english": "The institutions can't open without the authorization of the ministry.", "luganda": "Amatendekero tegasobola kuggulawo nga minisitule tegawadde lukusa." }, { "english": "Students had to first confirm if their schools had been allowed to operate.", "luganda": "Abayizi baalina okusooka okukakasa obanga amasomero gaabwe gaali gakkiriziddwa okuggulawo." }, { "english": "Some schools may open illegally.", "luganda": "Amasomero agamu gayinza okuggulawo naye nga tegannaweebwa lukusa." }, { "english": "The schools were closed for various reasons.", "luganda": "Ensonga ezaaviirako amasomero okuggalwa za njawulo." }, { "english": "There may be a lot of changes within the company.", "luganda": "Wayinza okubaawo enkyukakyuka nnyingi mu kampuni." }, { "english": "Some of the late musician's things are missing.", "luganda": "Ebimu ku bintu by'omuyimbi eyafa tebirabika." }, { "english": "They promised not to disappoint their fans.", "luganda": "Baasuubiza obutayiwa bawagizi baabwe." }, { "english": "New team members are being trained.", "luganda": "Bamemba ba ttiimu abapya batendekebwa." }, { "english": "Some teams are not ready for the upcoming games.", "luganda": "Ttiimu ezimu tezeetegekedde mpaka ezijja." }, { "english": "The quality of education provided to children should be improved.", "luganda": "Omutindo gw'obuyigirize obuweebwa abaana gusaanidde okulinnyisibwa." }, { "english": "This project will be funded by foreign organizations.", "luganda": "Ebibiina by'ebweru bye bijja okussa ssente mu projekiti eno." }, { "english": "They plan to train people in several parts of the country.", "luganda": "Bateekateeka okutendeka abantu mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu." }, { "english": "He wrote the news story.", "luganda": "Ye yawandiika emboozi eyafulumira mu mawulire." }, { "english": "He had many supporters.", "luganda": "Yalina abawagizi bangi." }, { "english": "Our reporter will tell us more.", "luganda": "Abasasi baffe bajja kutubuulira ebisingawo." }, { "english": "He was moved to another prison.", "luganda": "Yatwalibwa mu kkomera eddala." }, { "english": "His wife wanted to see him before he left.", "luganda": "Mukyala we yali ayagala kumulaba nga tannatwalibwa." }, { "english": "He was one of a kind.", "luganda": "Yali wa njawulo." }, { "english": "The students are not happy with the university rules.", "luganda": "Abayizi si basanyufu na mateeka ga yunivasite." }, { "english": "That behavior is unacceptable in society.", "luganda": "Enneeyisa eyo tekkirizibwa." }, { "english": "Students fail to concentrate on their studies because of strikes.", "luganda": "Obwediimo bulemesa abayizi okussaayo omwoyo ku misomo gyabwe." }, { "english": "The land no longer belongs to the royal family.", "luganda": "Ettaka terikyali lya bwakabaka." }, { "english": "She is not on good terms with her family.", "luganda": "Ye n'ab'omu maka ge tebalima kambugu." }, { "english": "Further investigation into the case will be done.", "luganda": "Omusango ogwo bajja kweyongera okugunoonyerezaako." }, { "english": "Some students have been taken to jail.", "luganda": "Abayizi abamu baatwalibwa mu kkomera." }, { "english": "It is unfair to increase the tuition.", "luganda": "Si kya bwenkanya kwongeza bisale bya yunivasite." }, { "english": "More news updates will be given later.", "luganda": "Amawulire agasingawo gajja kutuweebwa edda." }, { "english": "Traders are not following the rules.", "luganda": "Abasuubuzi tebagoberera mateeka." }, { "english": "There are several kidnaps happening in the district now.", "luganda": "Abantu bangi mu disitulikiti bawambiddwa." }, { "english": "We have enough information on the topic.", "luganda": "Bye tumanyi ku nsonga eyo bimala." }, { "english": "A plan to enable telecom companies to use the same equipment is being developed.", "luganda": "Enteekateeka zikolebwa okusobozesa kampuni z'amasimu okukozesa ebintu bye bimu." }, { "english": "The telecom companies will use the available facilities for the work.", "luganda": "Kampuni z'amasimu zijja kukozesa ebintu ebiriwo okukola omulimu." }, { "english": "There will be a change in the payment structure for civil servants.", "luganda": "Wagenda kubaawo enkyukakyuka mu nsasula y'abakozi ba gavumenti." }, { "english": "The experts' salaries are to be increased.", "luganda": "Emisaala gy'abakugu gigenda kwongezebwa." }, { "english": "This decision is unfair and will yield negative results.", "luganda": "Kye basazeewo si kya bwenkanya era kijja kuvaamu ebizibu." }, { "english": "The wages for each civil servant are to be increased.", "luganda": "Omusaala gwa buli mukozi wa gavumenti gugenda kwongezebwa." }, { "english": "Many people are getting sick.", "luganda": "Abantu bangi balwadde." }, { "english": "Those that may be infected are being given treatment.", "luganda": "Abo abayinza okuba nga bakwatiddwa obulwadde baweebwa obujjanjabi." }, { "english": "The cause of the problem is not yet known.", "luganda": "Tekinnamanyibwa buzibu kwe buvudde." }, { "english": "The youth have been told to be careful while going abroad to work.", "luganda": "Abavubuka bakubiriziddwa okuba abeegendereza nga bagenda okukolera mu nsi z'ebweru." }, { "english": "People tend to suffer when they go abroad to work.", "luganda": "Abantu abagenda okukolera mu nsi z'ebweru batera okubonaabonerayo." }, { "english": "The company was popular.", "luganda": "Kampuni yali emanyiddwa nnyo." }, { "english": "The firm was forced to stop its operations.", "luganda": "Kampuni yaggalwawo." }, { "english": "They looked for him to do an interview.", "luganda": "Baamunoonya okubaako ebibuuzo bye bamubuuza." }, { "english": "The people should protect themselves.", "luganda": "Abantu balina okwekuuma." }, { "english": "The rebellion led to the death of many innocent people.", "luganda": "Akeediimo kaaviirako bantu bangi abatalina musango okufa." }, { "english": "The supporters were not happy with the court session.", "luganda": "Abawagizi tebaasanyukira ngeri bintu gye byakwatibwamu mu kkooti." }, { "english": "The venue for the meeting was far away.", "luganda": "Ekifo awaali wagenda okuba olukungaana kyali wala." }, { "english": "The final result will depend on several factors.", "luganda": "Eby'enkomeredde bijja kusinziira ku bintu ebiwerako." }, { "english": "The court case was about a land wrangle.", "luganda": "Omusango ogwawulirwa kkooti gwali gukwata ku nkaayana za ttaka." }, { "english": "The police orders were not followed.", "luganda": "Ebiragiro bya kkooti tebyagobererwa." }, { "english": "There have been several arrests this month.", "luganda": "Abantu bangi bakwatiddwa omwezi guno." }, { "english": "Security organizations are very cruel to the suspects.", "luganda": "Ab'eby'okwerinda batulugunya nnyo abantu be bateebereza okuzza emisango." }, { "english": "The number of victims of nodding disease is increasing.", "luganda": "Abantu abalina obulwadde obw'okunyeenya omutwe beeyongedde." }, { "english": "More people have been infected with the virus", "luganda": "Abantu bangi bakwatiddwa obulwadde." }, { "english": "The medicine has side effects.", "luganda": "Eddagala lirina engeri gye liyisa obubi omuntu." }, { "english": "He presented the information.", "luganda": "Yabibategeeza." }, { "english": "The lawyers are not performing their duties.", "luganda": "Bannamateeka tebakola mirimu gyabwe." }, { "english": "It takes a long time for the court cases to be resolved.", "luganda": "Emisango gitwala ebbanga ddene nga teginnakolwako." }, { "english": "He has the entire story of what happened.", "luganda": "Alina kalonda yenna ku byaliwo." }, { "english": "The committee was not supposed to be involved.", "luganda": "Akakiiko tekaalina kubiyingiramu." }, { "english": "She will send a letter to her rival.", "luganda": "Ajja kusindikira amuvuganya ebbaluwa." }, { "english": "They violated the company rules.", "luganda": "Baamenya amateeka ga kampuni." }, { "english": "A couple faked its kidnap.", "luganda": "Omwami ne mukyala we beewamba." }, { "english": "They have been arrested.", "luganda": "Baakwatiddwa." }, { "english": "They sent money to the culprits.", "luganda": "Baaweereza ssente abazzi b'emisango abo." }, { "english": "The team has arrived.", "luganda": "Ttiimu etuuse." }, { "english": "They traveled for the games.", "luganda": "Baagenda mu mpaka." }, { "english": "She was waiting for them at the airport.", "luganda": "Yali abalindiridde ku kisaawe ky'ennyonyi." }, { "english": "He was in another relationship.", "luganda": "Yalina omukazi omulala." }, { "english": "He is not allowed to work anymore.", "luganda": "Takyakkirizibwa kukola." }, { "english": "She must meet the committee.", "luganda": "Alina okusisinkana akakiiko." }, { "english": "She had missed the previous meeting.", "luganda": "Teyali mu lukungaana olwaggwa." }, { "english": "Part of the land belongs to the government.", "luganda": "Erimu ku ttaka lya gavumenti." }, { "english": "They will not be allowed to operate anymore.", "luganda": "Tebajja kukkirizibwa kuddamu kukola." }, { "english": "The facility will stop all its operations.", "luganda": "Bagenda kuggalawo buli kimu." }, { "english": "People can now replace their lost sim cards.", "luganda": "Kati abantu basobola okufuna kaadi empya ez'amazimu gaabwe ezaabula." }, { "english": "The companies had stopped issuing sim cards.", "luganda": "Kampuni zaali zaalekera awo okugaba kaadi z'amasimu." }, { "english": "They can’t afford to pay for electricity.", "luganda": "Tebasobola kusasula masannyalaze." }, { "english": "A lot of money is needed to clear the debt.", "luganda": "Ssente nnyingi ezeetaagibwa okusasula ebbanja." }, { "english": "Hiring foreign doctors will improve health services.", "luganda": "Okukozesa abasawo ab'ebweru kijja kulongoosa mu by'enzijanjaba." }, { "english": "Many foreign doctors will be employed.", "luganda": "Abasawo bangi okuva mu nsi z'ebweru bajja kuweebwa emirimu." }, { "english": "The plan had already been confirmed.", "luganda": "Enteekateeka ezo zaali zaamala dda okukakasibwa." }, { "english": "Why are they doing nothing about the rearrests?", "luganda": "Lwaki tebalina kye bakolawo ku bantu abaddamu okukwatibwa?" }, { "english": "They do not have a representative in the country.", "luganda": "Tebalina babaka mu ggwanga." }, { "english": "He can take away her job.", "luganda": "Asobola okumuggyako omulimu gwe." }, { "english": "They may end up working without pay.", "luganda": "Bayinza okukomekkereza nga bakoze tebasasuddwa." }, { "english": "They work under strict laws.", "luganda": "Bakolera wansi w'amateeka amakakkali." }, { "english": "They are not on good terms with the government.", "luganda": "Tebakwatagana na gavumenti." }, { "english": "They failed to work together.", "luganda": "Baalemagana okukolera awamu." }, { "english": "She has more issues to solve.", "luganda": "Alina ensonga nnyingi ez'okugonjoola." }, { "english": "She belongs to another family.", "luganda": "Wa mu maka malala." }, { "english": "They are doubting their connection to her.", "luganda": "Babuusabuusa nti bamulinako oluganda." }, { "english": "They are not supposed to give away the tools.", "luganda": "Tebalina kugaba bya kukozesa." }, { "english": "He is making changes in the organization.", "luganda": "Akola enkyukakyuka mu kibiina." }, { "english": "They have been given different jobs.", "luganda": "Baweereddwa emirimu egy'enjawulo." }, { "english": "The changes were made based on their skills.", "luganda": "Enkyukakyuka zaakolebwa nga basinziira ku bukugu bwe balina." }, { "english": "She explained the situation.", "luganda": "Yannyonnyola embeera bw'eri." }, { "english": "His competitor is allowed to leave the group.", "luganda": "Avuganya naye akkirizibwa okuva mu kibinja." }, { "english": "He is not happy with the former leader's actions.", "luganda": "Si musanyufu olw'ebyo omukulembeze eyaliko bye yakola." }, { "english": "He had a conversation with their boss.", "luganda": "Yayogerako ne mukama waabwe." }, { "english": "They should encourage farmers to start selling their crops.", "luganda": "Basaanidde okukubiriza abalimi okutandika okutunda ebirime byabwe." }, { "english": "They are using public resources to do their work.", "luganda": "Bakozesa ssente za gavumenti mu byabwe." }, { "english": "He gave a speech during the meeting.", "luganda": "Yayogera mu lukungaana." }, { "english": "The incident is explained further.", "luganda": "Ebyaliwo byongera okunnyonnyolwa." }, { "english": "The company has invited the public to buy shares.", "luganda": "Kampuni eyise abantu okugula emigabo." }, { "english": "The story will be continued tomorrow.", "luganda": "Emboozi eyo ejja kwongerwako enkya." }, { "english": "The arrests keep happening every night.", "luganda": "Buli kiro ab'eby'okwerinda bakwata abantu." }, { "english": "People should stay safe.", "luganda": "Abantu basaanidde okwekuuma." }, { "english": "He gave a speech on his birthday.", "luganda": "Yayogera ku mukolo gw'amazaalibwa ge." }, { "english": "All the data is in the report is accurate", "luganda": "Obubaka bwonna obuli mu alipoota butuufu." }, { "english": "The person who stole the land has been arrested.", "luganda": "Eyabba ettaka yakwatiddwa." }, { "english": "He had refused to cooperate.", "luganda": "Yali yeeremye." }, { "english": "People can easily buy and sell goods at the border.", "luganda": "Abantu kibanguyira okugula n'okutunda ebintu ku nsalo." }, { "english": "They signed the agreement.", "luganda": "Bassa omukono ku ndagaano." }, { "english": "Immunization helps to protect children from diseases.", "luganda": "Okugema abaana kibayamba obutakwatibwa ndwadde." }, { "english": "They are preparing for the event.", "luganda": "Beeteekerateekera omukolo." }, { "english": "The process of getting an identification card has been simplified.", "luganda": "Kati kyangu okufuna endagamuntu." }, { "english": "My retail shop failed because I was short of capital.", "luganda": "Edduuka lyange lyagwa olw'okuba saalina ssente ziriddukanya." }, { "english": "Accounting plays an important role in running a business.", "luganda": "Bizineesi okusobola okutambula obulungi kiba kikulu okuba n'embalirira." }, { "english": "I track my stock levels all the time.", "luganda": "Mmanya ebintu bye nnina buli kiseera." }, { "english": "We will have a netball game this weekend.", "luganda": "Wiikendi eno wagenda kubaawo omupiira gw'okubaka." }, { "english": "Their partnership has formed the coronation cup.", "luganda": "Omukago gwabwe gwavaamu ekikopo ky'amatikkira." }, { "english": "They are now business partners.", "luganda": "Kati bakolera wamu bizineesi." }, { "english": "The teams will be competing against each other.", "luganda": "Ttiimu zijja kuvuganya." }, { "english": "Farmers in the rural areas were supplied with poor-quality seeds.", "luganda": "Abalimu b'omu byalo baaweebwa ensigo ez'omutindo omubi." }, { "english": "The company facilitated ten people but only eight attended the workshop.", "luganda": "Kampuni yasasulira abantu kkumi naye abantu munaana bokka be baagenda mu musomo." }, { "english": "This year's statistics are disappointing.", "luganda": "Emiwendo gy'omwaka guno gimalamu amaanyi." }, { "english": "He became the king at a young age.", "luganda": "Yafuuka kabaka ku myaka emito." }, { "english": "The coronation ceremony will take place tomorrow.", "luganda": "Omukolo gw'amattikira gujja kubaawo nkya." }, { "english": "The president signed off the bill and it became a law.", "luganda": "Pulezidenti yassa omukono ku tteeka ne litongozebwa." }, { "english": "There was a disagreement among the legislators.", "luganda": "Waaliwo enkaayana wakati wa bannamateeka." }, { "english": "They agreed to remove trade barriers across the region.", "luganda": "Bakkiriza okuggyawo emiziziko mu by'obusuubuzi mu kitundu kyonna." }, { "english": "Uganda has increased its investment levels.", "luganda": "Uganda yeeyongedde okuteeka ssente mu bintu eby'enjawulo." }, { "english": "There was a meeting at the statehouse.", "luganda": "Waaliwo olukungaana mu maka g'obwa pulezidenti." }, { "english": "There is going to be a sports event.", "luganda": "Wagenda kubaawo empaka z'emizannyo." }, { "english": "The girls are good at sports.", "luganda": "Abawala bakola bulungi mu by'emizannyo." }, { "english": "The players will be trained to work together as a team.", "luganda": "Abazannyi bajja kutendekebwa okukolera awamu nga ttiimu." }, { "english": "The football team has resumed training ahead of their next game.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira ezzeemu okutendekebwa okusobola okweteekerateekera oluzannya oluddako." }, { "english": "Tanzania has won over Uganda.", "luganda": "Tanzania ewangudde Uganda." }, { "english": "They lost the match.", "luganda": "Baawanguddwa." }, { "english": "One of the teams suffered a loss.", "luganda": "Emu ku ttiimu yakubiddwa." }, { "english": "Banana growing is no longer profitable.", "luganda": "Okulima amatooke tekukyalimu ssente." }, { "english": "Farmers make a lot of profits in coffee growing.", "luganda": "Abalimi bakola ssente nnyingi mu kulima emmwanyi." }, { "english": "There has been an increase in fish farming in Eastern Uganda", "luganda": "Abantu beeyongedde okulunda ebyennyanja mu buvanjuba bwa Uganda" }, { "english": "Overfishing causes pressure on lakes.", "luganda": "Okuvuba ennyo ebyennyanja kikosa ennyanja." }, { "english": "Unemployment rates in Uganda have declined.", "luganda": "Abantu abatalina mirimu mu Uganda bakendedde." }, { "english": "The ministry seeks to improve the employment rate among the youth.", "luganda": "Ekitongole kyagala okukendeeza ku bbula ly'emirimu mu bavubuka." }, { "english": "The age limit bill has not yet been passed.", "luganda": "Etteeka eriggya ekkomo ku myaka terinnayisibwa." }, { "english": "They submitted their suggestions.", "luganda": "Baawaayo ebiteeso byabwe." }, { "english": "They were called to court.", "luganda": "Baayitibwa mu kkooti." }, { "english": "Many people have lost lives in the ongoing riots.", "luganda": "Abantu bangi bafiiridde mu kwekalakaasa okugenda mu maaso." }, { "english": "They asked the people to calm down.", "luganda": "Baasaba abantu okukkakkana." }, { "english": "The country's economic sector has greatly improved.", "luganda": "Eby'enfuna by'eggwanga byeyongedde okulongooka." }, { "english": "Uganda has invested in many projects.", "luganda": "Uganda etadde ssente mu projekiti nnyingi." }, { "english": "The Speaker of Parliament has withheld tax charges.", "luganda": "Sipiika wa paliyamenti agaanye okussaawo omusolo." }, { "english": "Farmers should not be charged taxes.", "luganda": "Abalimi tebalina kuggibwako musolo." }, { "english": "There has been a reduction in tax for farmers growing sugarcane.", "luganda": "Abalimi abalima ebikajjo bakendeezeddwako emisolo." }, { "english": "They are looking for votes.", "luganda": "Banoonya bululu." }, { "english": "Campaigns for the ruling party are going on.", "luganda": "Ekibiina ekiri mu buyinza kiri mu kukuba kampeyini." }, { "english": "They were put into different groups.", "luganda": "Baateekebwa mu bibinja bya njawulo." }, { "english": "Some people left the party.", "luganda": "Abantu abamu baayabulira ekibiina." }, { "english": "Each political party has one representative.", "luganda": "Buli kibiina ky'obufuzi kirina omuntu omu akikiikirira." }, { "english": "Police should not involve themselves in chaos.", "luganda": "Poliisi tesaanidde kwenyigira mu buvuyo." }, { "english": "The entire exercise will be secured.", "luganda": "Enteekateeka zonna zijja kutambula bulungi." }, { "english": "The old leaders should leave power to the younger generation.", "luganda": "Abakulembeze abakaddiye basaanidde okuva mu buyinza balekere abakyali abato." }, { "english": "The funds have been embezzled", "luganda": "Ssente zabbibwa." }, { "english": "The government has invested more resources into the healthcare system.", "luganda": "Gavumenti eyongedde okussa ssente mu by'obulamu." }, { "english": "The government should invest in other projects apart from wealth creation.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okuteeka ssente mu projekiti endala ng'oggyeeko projekiti ya bonna bagaggawale." }, { "english": "Ten clans participated in the competition.", "luganda": "Ebika kkumi bye byenyigira mu mpaka." }, { "english": "Infants usually suffer from Colic.", "luganda": "Abaana abawere batera okukaaba ennyo wadde nga sibalwadde ate ng'enjala tebaluma kye bayita Colic." }, { "english": "Pregnant mothers should visit the hospital.", "luganda": "Bamaama abali embuto basaanidde okugendanga mu ddwaliro." }, { "english": "Pregnant mothers are discouraged from using local herbs.", "luganda": "Bamaama abali embuto tebakkirizibwa kukozesa ddagala lya kinnaansi." }, { "english": "She spoke to the children's doctor at the hospital.", "luganda": "Yayogerako n'omusawo w'abaana ku ddwaliro." }, { "english": "They received a charity fund to construct the library.", "luganda": "Baaweebwa obuyambi bw'ensimbi okuzimba etterekero ly'ebitabo." }, { "english": "The library has been set up for public use.", "luganda": "Etterekero ly'ebitabo liteekeddwawo abantu bonna okulikozesa." }, { "english": "They raised enough funds.", "luganda": "Baakungaanya ssente ezimala." }, { "english": "Members of the political party are fighting against themselves.", "luganda": "Bamemba b'ekibiina ky'eby'obufuzi balwanagana." }, { "english": "They lost the elections.", "luganda": "Baawangulwa mu kalulu." }, { "english": "The president wants his political party to win.", "luganda": "Pulezidenti ayagala ekibiina kye kiwangule." }, { "english": "The citizens want new leadership.", "luganda": "Abantu baagala bukulembeze bupya." }, { "english": "The former police chief is in custody.", "luganda": "Eyaliko omukulu wa poliisi yasibibwa." }, { "english": "He is contesting for a parliamentary seat.", "luganda": "Avuganya ku kifo ky'omu paliyamenti." }, { "english": "His life is in danger.", "luganda": "Obulamu bwe buli mu kabi." }, { "english": "He was killed by the police.", "luganda": "Yattibwa poliisi." }, { "english": "All public holidays are honored.", "luganda": "Ennaku zonna ez'okuwummula zisibwamu ekitiibwa." }, { "english": "The country has invested in various sectors to eradicate poverty.", "luganda": "Eggwanga litadde ssente mu bizineesi nnyingi okusobola okugonjoola ekizibu ky'obwavu." }, { "english": "The great men are always celebrated.", "luganda": "Abasajja ab'amaanyi batenderezebwa buliijo." }, { "english": "The man was jailed for several years.", "luganda": "Omusajja yasibibwa okumala emyaka egiwerako." }, { "english": "They planted trees in the region.", "luganda": "Baasimba emiti mu kitundu." }, { "english": "Their concerns have been worked upon.", "luganda": "Ebirowoozo byabwe byakolebwako." }, { "english": "He was tried in court today.", "luganda": "Yawozeseddwa leero mu kkooti." }, { "english": "I would like to know whether it is important to go by the rules.", "luganda": "Njagala okumanya obanga kikulu okugoberera amateeka." }, { "english": "The traffic officers have got a new uniform.", "luganda": "Abasirikale b'ebidduka baafunye unifoomu empya." }, { "english": "They calmed themselves down.", "luganda": "Bekkakkanya." }, { "english": "Mobile money and social media are to be taxed.", "luganda": "Mobile money n'emikutu emigattabantu bigenda kuggibwako omusolo." }, { "english": "They met at the statehouse.", "luganda": "Baasisinkana ku maka g'obwa pulezidenti." }, { "english": "They were not allowed in the meeting.", "luganda": "Tebakkirizibwa mu lukungaana." }, { "english": "Presidents are allowed to visit any country.", "luganda": "Bapulezidenti bakkirizibwa okukyala mu mawanga amalala." }, { "english": "Investors are exempted from arrests.", "luganda": "Bayinvesita tebalina kukwatibwa." }, { "english": "There has been an increase in the number of arrests.", "luganda": "Wabaddewo okweyongera mu muwendo gw'abantu abakwatibwa poliisi." }, { "english": "Uganda has inadequate resources.", "luganda": "Uganda terina ssente zimala." }, { "english": "Giving to charity is a sign of a big heart.", "luganda": "Okuyamba abatalina mwasirizi kabonero akalaga omutima omulungi." }, { "english": "There will be a charity walk next week.", "luganda": "Wiiki ejja wajja kubaawo okutambula okunaavaamu ssente ez'okuyamba abatalina mwasirizi." }, { "english": "The guidelines are meant to be followed.", "luganda": "Obulagirizi bulina okugobererwa." }, { "english": "All police officers combined effort to end the protests.", "luganda": "Abasirikale ba poliisi bonna baakolera wamu okukomya okwekalakaasa." }, { "english": "They managed to stop the protests.", "luganda": "Baasobola okukomya okwekalakaasa." }, { "english": "They have refused to attend to any parliamentary business.", "luganda": "Bagaanye okukola omulimu gwa paliyamenti gwonna." }, { "english": "The meetings were suspended.", "luganda": "Enkungaana zaasazibwamu." }, { "english": "Various sectors of the country have improved.", "luganda": "Bizineesi ez'enjawulo mu ggwanga zirinye omutindo." }, { "english": "It is hard to acquire the market for new business in Uganda.", "luganda": "Kizibu okufunira bizineesi empya akatale mu Uganda." }, { "english": "Government officials in Uganda retire at sixty-five years of age.", "luganda": "Abakungu ba gavumenti mu Uganda bawummulira ku myaka nkaaga mu etaano." }, { "english": "Uganda has a big budget this year.", "luganda": "Uganda erina bajeti nnene omwaka guno." }, { "english": "Improved infrastructure boosts economic development.", "luganda": "Ebizimbe ebiri ku mutindo bitumbula eby'enfuna." }, { "english": "Various projects are under implementation.", "luganda": "Projekiti ez'enjawulo ziri mu kukolebwako." }, { "english": "Uganda always has a deficit budget.", "luganda": "Buli kiseera Uganda eba mu mabanja." }, { "english": "Everyone is responsible for their actions.", "luganda": "Buli omu avunaanyizibwa olw'ebyo by'akola." }, { "english": "The student who is in jail has been sentenced.", "luganda": "Omuyizi ali mu kkomera yaweebwa ekibonerezo." }, { "english": "A lot of money is collected from taxes every financial year.", "luganda": "Obuttittimbe bw'ensimbi bukungaanyizibwa ku misolo buli mwaka" }, { "english": "The authority collects revenue on behalf of the government.", "luganda": "Ab'obuyinza bakungaanya emisolo ku lwa gavumenti" }, { "english": "Uganda's economy is made up of the informal sector.", "luganda": "Bannekoleragyange be basinga obungi mu by'enfuna bya Uganda" }, { "english": "How can I join the journalism profession?", "luganda": "Nnyinza ntya okuyingira eby'amawulire?" }, { "english": "Railway transport is not a common means of transport in Uganda.", "luganda": "Bannayuganda tebatera kukozesa gaali ya mukka" }, { "english": "More funds were allocated to the security sector this financial year.", "luganda": "Ssente nnyingi zaateekebwa mu kitongole ky'eby'okwerinda mu mwaka guno ogw'eby'ensimbi" }, { "english": "She is very talkative.", "luganda": "Omukyala oyo mwogeziyogezi." }, { "english": "The public should avoid making false accusations against the government.", "luganda": "Abantu basaanidde okulekera awo okwogera eby'obulimba ku gavumenti" }, { "english": "How are public concerns on the national budget handled?", "luganda": "Okwemulugunya kw'abantu ku mbalirira y'eggwanga kukoleddwako kutya?" }, { "english": "Our company's financial year also ends in June.", "luganda": "Omwaka gw'eby'ensimbi ogwa kampuni yaffe nagwo guggwaako mu mwezi gwa Jjuuni" }, { "english": "People with double standards are not reliable.", "luganda": "Abantu abatambulira mu bulamu obw'emirundi ebiri tebeesigika" }, { "english": "A relative amount of funds is allocated to the agricultural sector every financial year.", "luganda": "Mu buli mwaka gw'eby'ensimbi eby'obulimi tebiteekebwamu ssente zemala" }, { "english": "The estimated revenue collections increase each financial year.", "luganda": "Ssente eziba ziteebeerezebwa okukungaanyizibwa mu misolo zeeyongera buli mwaka" }, { "english": "The disobedient are often punished more.", "luganda": "Abajeemu be basinga okubonerezebwa" }, { "english": "The ruling party's political candidates' campaigns were funded.", "luganda": "Abeesimbawo okuva mu kibiina ekiri mu buyinza baayambibwako mu by'ensmbi" }, { "english": "It is normal for people to disagree on certain things.", "luganda": "Kya bulijjo abantu obutakkiriziganya ku nsonga ezimu." }, { "english": "It is very expensive to acquire a piece of land in urban areas.", "luganda": "Ettaka ligula buwanana mu bitundu ebiri mu bibuga" }, { "english": "He is one of the richest men in the city.", "luganda": "Y'omu ku basajja abasingayo okuba abagagga mu kibuga." }, { "english": "Employees hand in work-related reports to their employers every month.", "luganda": "Buli mwezi abakozi bawaayo alipoota eri bakama baabwe ezikwata ku mirimu gye baba bakoze." }, { "english": "Different sectors are allocated funds in the budget.", "luganda": "Embalirira essa ssente mu bitongole ebitali bimu" }, { "english": "Agriculture is the backbone of Uganda's economy.", "luganda": "Eby'obulimi bye biyimirizaawo eby'enfuna bya Uganda" }, { "english": "People that have grown up in harsh conditions tend to be miserable.", "luganda": "Abantu abaakulira mu mbeera enzibu batera okuba abeenyamivu" }, { "english": "Countrymen enjoy international football than local football.", "luganda": "Abantu ba wano banyumirwa nnyo emipiira gy'ebweru okusinga egya wano." }, { "english": "Is the country in a position to pay its debts?", "luganda": "Ddala eggwanga lisobola okusasula ebbanja lyalyo?" }, { "english": "Uganda has lots of debt with other countries.", "luganda": "Ensi endala zibanja Uganda ssente nnyingi." }, { "english": "The national budget is prepared by the ministry of finance.", "luganda": "Embalirira ya Uganda etegekebwa kitongole ky'eby'ensimbi." }, { "english": "Misuse of public funds is punishable by law.", "luganda": "Amateeka gakirambika bulungi nti abo abakozesa obubi ssente za gavumenti basobola okubonerezebwa." }, { "english": "The supplementary budget was presented before parliament.", "luganda": "Embalirira ey'ennyongerereza yayanjulwa eri palamenti." }, { "english": "Corrupt government officials should be investigated.", "luganda": "Abakungu ba gavumenti abalya enguzi basaanidde okunoonyerezebwako." }, { "english": "Who appoints the Inspector General of Government?", "luganda": "Ani alonda kaliisoliiso w'ebitongole bya gavumenti?" }, { "english": "He has ill manners.", "luganda": "Alina empisa embi." }, { "english": "I listened keenly to the president's speech.", "luganda": "Nnawuliriza bulungi okwogera kwa pulezidenti" }, { "english": "She holds very high expectations of the future.", "luganda": "Alina esuubi lya maanyi nnyo ku biseera eby'omu maaso." }, { "english": "He did not fulfill any of his promises.", "luganda": "Tewali wadde n'ekimu ku ebyo bye yasuubiza kye yatuukiriza." }, { "english": "I promised to pay his school fees.", "luganda": "Nnamusuubiza okumusasulira ebisale by'esomero." }, { "english": "It is better for a landlord to have a land title.", "luganda": "Kiba kirungi landiloodi n'abeera n'ekyappa ky'ettaka." }, { "english": "The biggest part of the land in the central region is owned by the Kabaka.", "luganda": "Ettaka erisinga obunene mu Buganda lya Kabaka." }, { "english": "I shall hand in my report on Monday.", "luganda": "Alipoota yange nja kugiwaayo ku Bbalaza." }, { "english": "The thief was killed last week.", "luganda": "Omubbi yattibwa wiiki ewedde" }, { "english": "I was in the hostel all throughout my university.", "luganda": "Ekiseera kyonna kye nnali mu Yunivasite nnasulanga mu kisulo." }, { "english": "The report is under review.", "luganda": "Alipoota bagyekenneenya." }, { "english": "The new education curriculum was officially introduced last year.", "luganda": "Enteekateeka empya erina okugobererwa mu by'enjigiriza yayanjulwa omwaka oguwedde." }, { "english": "Parents should encourage their children to stay in school.", "luganda": "Abazadde basaanidde okukubiriza abaana baabwe okusigala ku ssomero." }, { "english": "Is it necessary to set a minimum wage?", "luganda": "Kyetaagisa okussaawo ssente ezisookerwako omukozi z'alina okusasulwa?" }, { "english": "How much is your gross salary a month?", "luganda": "Omusaala ofuna gwa ssente mmeka buli mwezi?" }, { "english": "Uganda Airlines has resumed its operations.", "luganda": "Entambula y'ennyonnyi mu Uganda yazzeemu" }, { "english": "I plan to travel abroad.", "luganda": "Nnina enteekateeka y'okugenda mu nsi z'eby'ebweru" }, { "english": "I was not impressed by the whole story.", "luganda": "Byonna ebyayogerwa tebyansanyusa" }, { "english": "When is the next football league?", "luganda": "Empaka z'omupiira eziddako za ddi?" }, { "english": "What brings you happiness?", "luganda": "Kiki ekikusanyusa?" }, { "english": "Life after death remains a mystery.", "luganda": "Tewali amanyi kibaawo ng'omuntu afudde." }, { "english": "Some of his relatives died of coronavirus.", "luganda": "Abamu ku b'enganda ze baafa ekirwadde kya korona" }, { "english": "Her grandson died in prison.", "luganda": "Muzukulu we yafiira mu kkomera" }, { "english": "She told her version of the story.", "luganda": "Yayogera by'amanyi ku nsonga eyo." }, { "english": "The martyrs were of Anglican and Catholic faith.", "luganda": "Abajulizi abamu baali Bakatoliki abalala baali Bapolotesitante." }, { "english": "I hosted the birthday party from my home.", "luganda": "Omukolo ogw'okukuza amazaalibwa gwali mu maka gange." }, { "english": "Muslims make pilgrimages to Mecca.", "luganda": "Abasiraamu balamaga e Meka." }, { "english": "What must be included in this report?", "luganda": "Biki ebirina okubeera mu alipoota eno?" }, { "english": "The schoolboy was left stranded in the bus park.", "luganda": "Omuyizi yalekebwa ku paaka ya baasi nga tamanyi kya kukola" }, { "english": "He is a liar I can’t trust him.", "luganda": "Mmulimba sisobola kumwesiga" }, { "english": "I travel by bus to school.", "luganda": "Nkozesa baasi okugenda ku ssomero." }, { "english": "The report will be put in the newspapers.", "luganda": "Alipoota ejja kubeera mu mpapula z'amawulire." }, { "english": "Old people should avoid walking very long distances.", "luganda": "Abantu abakuze mu myaka basaanidde okwewala okutambula engendo empaavu." }, { "english": "Some people died on their pilgrim walk to Namugongo martyrs shrines last year.", "luganda": "Omwaka oguwedde abantu abamu baafiira ku kkubo bwe baali bagenda okulamaga e Namugongo ku kiggwa ky'abajulizi." }, { "english": "The couple signed the marriage agreement.", "luganda": "Abafumbo baassa emikono ku ndagaano y'obufumbo" }, { "english": "People in war-torn areas seek peace elsewhere.", "luganda": "Abantu ababa mu bitundu ebibaamu entalo bavaayo ne bagenda awalala gye basobola okufunira emirembe." }, { "english": "Religious leaders advocate for peace among people.", "luganda": "Abakulembeze b'amadiini bakubiriza abantu okuba n'emirembe." }, { "english": "My grandfather is a retired bishop.", "luganda": "Jjajjange yali bisopu." }, { "english": "The swearing-in ceremony is live on television.", "luganda": "Omukolo gw'okulayiza kulagibwa kati ku ttivi." }, { "english": "Who killed the martyrs?", "luganda": "Ani yatta abajulizi?" }, { "english": "His parents were of the Christian faith.", "luganda": "Bazadde be baali bakulistaayo." }, { "english": "Mining activity is a threat to the environment.", "luganda": "Okuyiikuula eby'obugagga eby'omu ttaka kusobola okubeera okw'akabi eri obutonde bw'ensi." }, { "english": "What is required to carry out mining activities?", "luganda": "Biki ebyetaagisa okusobola okukola omulimu gw'okuyiikuula eby'obugagga obw'omu ttaka?" }, { "english": "Water supply has been properly regulated by the government.", "luganda": "Gavumenti ekoze enteekateeka ennungi abantu okusobola okufuna amazzi." }, { "english": "It is human to eat and drink.", "luganda": "Abantu balina okulya n'okunywa." }, { "english": "The story is to be continued.", "luganda": "Emboozi ejja kweyongela mu maaso." }, { "english": "My daughter fears caterpillars.", "luganda": "Muwala wange atya ebisaanyi." }, { "english": "Today's news was annoying.", "luganda": "Amawulire ga leero gabadde ganyiiza" }, { "english": "Some government programs are in place to assist the youths.", "luganda": "Enteeteeka za gavumenti ezimu ziriwo kuyamba bavubuka." }, { "english": "Commercial agriculture is a source of income.", "luganda": "Okulima eby'okutunda kiyamba abantu okweyimirizaawo mu by'enfuna." }, { "english": "Several projects have been put in place to skill the youths.", "luganda": "Pulojekiti nnyingi ziteekebwawo okubangula abavubuka." }, { "english": "Pilgrims from all parts of the country visit Namugongo on martyrs day.", "luganda": "Abalamazi okuva mu bitundu byonna eby'eggwanga bagenda ku kiggwa ky'abajulizi e Namugongo." }, { "english": "Boda Bodas is a faster means of transport compared to vehicles.", "luganda": "Entambula ya bodaboda eyanguya okusinga ey'e mmotokka." }, { "english": "Her father is a Ugandan while her mother is Dutch.", "luganda": "Kitaawe Munnayuganda ate nnyina Mudaaki." }, { "english": "Some people are discriminated against based on age race gender or disability.", "luganda": "Abantu abamu basosolebwa olw'emyaka gyabwe langi yaabwe ekikula kyabwe n'olw'obulemu bwe balina." }, { "english": "I always prepare ahead of time.", "luganda": "Ntera okwetegeka nga bukyali." }, { "english": "When is martyrs' day celebrated?", "luganda": "Olunaku lw'okujjukirirako abajulizi lubaawo ddi?" }, { "english": "The final wedding preparations are today.", "luganda": "Enteekateeka z'embaga ziggwa leero." }, { "english": "Tourists come to visit the Namugongo martyrs shrines.", "luganda": "Abalambuzi bajja ne balambula ekiggwa ky'abajulizi e Namugongo." }, { "english": "He is a boda-boda rider.", "luganda": "Muvuzi wa bodaboda." }, { "english": "Every third of June thousands of people visit the Namugongo shrines.", "luganda": "Buli nga ssatu Jjuuni enkumi n'enkumi z'abantu bakyala ku kiggwa ky'abajulizi e Namugongo." }, { "english": "Believers make pilgrims an act of righteousness.", "luganda": "Abakkiriza balamaga okusobola okwoleka obutuukirivu bwabwe." }, { "english": "The Uganda Martyrs are celebrated every year in June.", "luganda": "Abajulizi ba Uganda bajjukirwa buli mwaka mu mwezi gwa Jjuuni." }, { "english": "The rehearsals shall begin tomorrow.", "luganda": "Okwegezaamu kujja kutandika enkya." }, { "english": "He hired a lawyer to assist him throughout the court case.", "luganda": "Yapangisa munnamateeka okumuyambako mu musango gwe gwonna." }, { "english": "Maximize every opportunity at hand.", "luganda": "Kozesa bulungi buli kakisa akaliwo." }, { "english": "The stakeholders shall be given accountability.", "luganda": "Abo be kikwatako bajja kutegeezebwa ebikwata ku nsaasanya." }, { "english": "She told me everything I needed to know.", "luganda": "Yambuulira buli kimu kye nnali nnetaaga okumanya." }, { "english": "Does Uganda have a railway line?", "luganda": "Ddala Uganda erina ekkubo ly'egaali y'omukka?" }, { "english": "The government borrows money from other countries", "luganda": "Gavumenti yeewola ssente ku nsi endala." }, { "english": "Education has caused a great impact on society.", "luganda": "Obuyigirize bulina eky'amaanyi kye bukoze ku bantu." }, { "english": "I passed all the questions in the examination paper.", "luganda": "Nnatuuka ebibuuzo byonna ebyali ku lupapula lw'ebibuuzo." }, { "english": "The presidential advisors are appointed by the president himself.", "luganda": "Abo abawa pulezidenti amagezi ye kennyini y'abalonda." }, { "english": "He is his father's successor.", "luganda": "Ye musika wa Kitaawe." }, { "english": "She sold her piece of land to the investor.", "luganda": "Ettaka lye yaliguza musigansimbi." }, { "english": "New domestic taxes have been introduced.", "luganda": "Baleese emisolo emirala abantu gye balina okuwa." }, { "english": "The social media tax has been removed.", "luganda": "Emisolo egibadde ku mikuttu emigattabantu gigyiddwawo." }, { "english": "The village was attacked by rebels yesterday.", "luganda": "Olunaku lwa jjo abayeekera baalumba ekyalo." }, { "english": "What causes tribal wars?", "luganda": "Kiki ekiviirako entalo z'amawanga?" }, { "english": "All the casualties were rushed to the hospital.", "luganda": "Bonna abaafuna ebisago baadusibwa mu ddwaliro." }, { "english": "Uganda is a peaceful country.", "luganda": "Uganda nsi ya mirembe." }, { "english": "Most of the activities are carried out during the day.", "luganda": "Emirimu egisinga obungi gikolebwa misana." }, { "english": "There is income inequality in Uganda.", "luganda": "Eby'enfuna ya Uganda si bya kyenkanyi." }, { "english": "The security sector was given priority in the current budget.", "luganda": "Eby'okwerinda byaweebwa enkizo ku birala mu mbalirira y'eggwanga." }, { "english": "He covered the incident at the scene.", "luganda": "Yawa alipoota ekwata ku byaliwo byonna." }, { "english": "I watched the reading of the budget live on the television.", "luganda": "Nnalaba embalirira y'eggwanga ng'esomebwa ku ttivi." }, { "english": "Uganda is a member of the East African Community.", "luganda": "Uganga y'emu ku nsi eziri ku East African Community." }, { "english": "Most of the tax rates have been increased this financial year.", "luganda": "Emisolo egisinga obungi gyongezeddwa mu mwaka guno ogw'eby'ensimbi." }, { "english": "Uganda received foreign aid to fight coronavirus.", "luganda": "Uganda yafuna obuyambi okuva mu nsi z'ebweru okusobola okulwanyisa ekirwadde kya korona." }, { "english": "The secretary will share the highlights of the meeting.", "luganda": "Omuwandiisi ajja kubategeeza ebikulu ebyali mu lukungaana." }, { "english": "The president's national address was shown live on every television.", "luganda": "Okwogera kwa pulezidenti eri eggwanga kwali ku ttivi." }, { "english": "How often does the president address the nation?", "luganda": "Pulezidenti ayisaawo bbanga ki okwogera eri eggwanga?" }, { "english": "His message was clearly understood by everyone.", "luganda": "Buli omu yategeera bulungi bye yayogera." }, { "english": "Parents shall pick their children's reports from school today.", "luganda": "Abazadde bajja kukima alipoota z'abaana baabwe ku ssomero leero." }, { "english": "What is the role of presidential advisors?", "luganda": "Abawi b'amagezi aba pulezidenti balina mulimu ki?" }, { "english": "There is so much to learn about the law.", "luganda": "Waliwo bingi eby'okuyiga ku mateeka." }, { "english": "A special committee was put in place to solve land disputes.", "luganda": "Ak'akakiiko ak'enjawulo kaassibwawo okusobola okugonjoola enkayana z'ettaka." }, { "english": "What is the purpose of the supplementary budget?", "luganda": "Embalirira ey'ennyongereza erina kiruubirirwa ki?" }, { "english": "I doubt their level of integrity.", "luganda": "Mbusaabuusa obwesigwa bwabwe." }, { "english": "Why do we need a budget?", "luganda": "Lwaki twetaaga embalirira?" }, { "english": "The agriculture sector contributes to the economic growth of the country.", "luganda": "Eby'obulimi bikola kinene nnyo mu kukulaakulanya eby'enfuna by'eggwanga." }, { "english": "I employ over thirty workers on my farm.", "luganda": "Nkozesa abantu abasukka mu makumi asatu ku faamu yange." }, { "english": "The industries in Namanve have provided jobs for the residents.", "luganda": "Amakolero g'e Namanve gasobozesezza abantu b'omu kitundu okufuna emirimu." }, { "english": "Most of the manufacturing industries are privately owned.", "luganda": "Amakolero agasinga obungi ga bwannanyini" }, { "english": "Some parts of Uganda have no electricity supply.", "luganda": "Ebitundu ebimu ebya Uganda teriiyo masanyalaze." }, { "english": "Do not tell him everything.", "luganda": "Tomubuulira buli kimu." }, { "english": "The suspects will be taken to court.", "luganda": "Abateeberezebwa bajja kutwalibwa mu kkooti." }, { "english": "What is your religious name?", "luganda": "Erinnya lyo ery'eddiini gw'ani?" }, { "english": "We are waiting for the police report on the murder.", "luganda": "Tulinda alipoota ya poliisi ekwata ku ttemu." }, { "english": "He was arrested for being idle and disorderly.", "luganda": "Yakwatibwa ng'avunaanibwa okuba kireerese." }, { "english": "There is no debate on the president's directive.", "luganda": "Tekyetaagisa kukubaganya birowoozo ku bulagirizi pulezidenti bwe yawa." }, { "english": "We had a very long conversation yesterday.", "luganda": "Olunnaku lwa jjo twanyumizza nnyo." }, { "english": "The court found her guilty of the crime.", "luganda": "Kkooti yakizuula nti omusango yaguzza." }, { "english": "Under what conditions can the court cancel an election?", "luganda": "Kkooti okusazaamu okulonda eyinza kusinziira ku ki?" }, { "english": "We had two people in the classroom with the same name.", "luganda": "Mu kibiina twalina abantu babiri abafaanaganya amannya." }, { "english": "She is a very friendly person.", "luganda": "Ayanguyirwa abantu abalala." }, { "english": "I will build a house in the future.", "luganda": "Gye bujja njakuzimba ennyumba." }, { "english": "When he admitted to the crime he was forgiven.", "luganda": "Bwe yakkiriza omusango yasonyiyibwa." }, { "english": "Is police lawfully allowed to torture prisoners?", "luganda": "Amateeka gaakkiriza poliisi okutulugunya omusibe?" }, { "english": "He is being investigated for embezzling public funds.", "luganda": "Anoonyerezebwako olw'okubba ssente za gavumenti." }, { "english": "Banks loan money to people.", "luganda": "Bbanka ziwola abantu ssente." }, { "english": "I only managed to watch the news headlines.", "luganda": "Mu mawulire nnasobodde kulabako bikulu byokka." }, { "english": "Many people have lost their jobs during the pandemic season.", "luganda": "Abantu bangi bafiiriddwa emirimu gyabwe mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "Kampala is the capital city of Uganda.", "luganda": "Kampala kye kibuga ekikulu ekya Uganda." }, { "english": "Many Ugandans prefer to live in the city.", "luganda": "Bannayuganda bangi baagala nnyo okubeera mu kibuga." }, { "english": "When you work together you achieve a lot.", "luganda": "Bwe mukolera awamu mufuna bingi." }, { "english": "Do not sign an agreement without reading through.", "luganda": "Tossa mukono ku ndagaano nga tomaze kugisoma." }, { "english": "Jobs improve people's standards of living.", "luganda": "Abantu bwe babeera n'emirimu embeera zaabwe zikyukako." }, { "english": "Industrial pollution is a threat to the environment.", "luganda": "Emikka egiva mu makolero gyonoona obutonde bw'ensi." }, { "english": "What should be done to conserve the environment?", "luganda": "Kiki ekisaanidde okukolebwa obutonde obutayonoonebwa?" }, { "english": "Many industries have been constructed in wetlands.", "luganda": "Amakolero mangi gazimbiddwa mu ntobazi." }, { "english": "Crops like rice millet and others grow in wetlands.", "luganda": "Ebirime gamba nga omukyere obulo n'ebirala birimibwa mu ntobazi." }, { "english": "I use a lot of water on my farm.", "luganda": "Mu faamu yange nkozesa amazzi mangi nnyo." }, { "english": "During the national address he talked about the increasing number of corona patients.", "luganda": "Mu kwogera kwe eri eggwanga yayogera ku balwadde b'ekirwadde kya korona abeeyongedde obungi." }, { "english": "The rentals were built in a swampy place.", "luganda": "Amayumba g'abapangisa gaazimbibwa mu ntobazi." }, { "english": "Politicians are not trustworthy.", "luganda": "Bannabyabufuzi tebeesigika." }, { "english": "He owns the biggest farm in the area.", "luganda": "Faamu esinga obunene mu kitundu yiye." }, { "english": "He feels hopeless after testing positive with the Human Immune Virus.", "luganda": "Awulira bubi nnyo olw'okuba bamukebedde ne bamusangamu ekirwadde kya mukenenya." }, { "english": "How is the coronavirus disease spread?", "luganda": "Ekirwadde kya korona kisaasana kitya?" }, { "english": "We have a cancer institute in Mulago hospital.", "luganda": "Tulina eddwaliro erijjanjaba kookola e Mulago." }, { "english": "Hospitals need to be well equipped with the necessary medical facilities.", "luganda": "Amalwaliro gasaanidde okubaamu ebintu byonna ebyetaagisibwa mu kujjanjaba." }, { "english": "Youths have been encouraged to take hold of any opportunity available.", "luganda": "Abavubuka bakubiriziddwa okukozesa akakisa konna akaliwo." }, { "english": "I was asked to present my bank statement to the embassy.", "luganda": "Nnasabibwa ntwale ekiwandiiko kyange ekya bbanka ku kitebbe." }, { "english": "Can a court ruling be objected to?", "luganda": "Ebyo kkooti by'eba esazeewo biyinza okuwakanyizibwa?" }, { "english": "The teacher's comment on the academic report was so pleasing.", "luganda": "Abasomesa bye baayogera ku alipoota ekwakata ku by'enjigiriza byali bisanyusa." }, { "english": "The former members of parliament are now mere normal citizens.", "luganda": "Abo abaaliko abakiise mu palamenti kati bantu ba bulijjo." }, { "english": "I was very disappointed by her behavior.", "luganda": "Enneeyisa ye yammalamu amaanyi." }, { "english": "Most of the government programs have not been successfully implemented.", "luganda": "Enteekateeka za gavumenti nnyingi tezinnassibwa mu nkola." }, { "english": "Despite his wonderful business ideas he has not started a single business.", "luganda": "Wadde ng'alina ebirowoozo ebirungi ebikwata ku bizineesi talina bizineesi yonna gye yali atandiseewo." }, { "english": "The report was written in English.", "luganda": "Alipoota yawandiikibwa mu Lungereza." }, { "english": "Red is my favorite color.", "luganda": "Langi emmyufu nze gye nsinga okwagala." }, { "english": "All her secrets were exposed.", "luganda": "Abyama bye byonna byagyibwayo mu lwatu." }, { "english": "Some politicians are after their gains.", "luganda": "Bannabyabufuzi abamu baluubirira kwefunira byabwe ku byabwe." }, { "english": "Our company manager was fired.", "luganda": "Manejja mu kampuni yaffe yagobebwa." }, { "english": "She is a qualified journalist.", "luganda": "Ye munnamawulire alina ebisaanyizo." }, { "english": "He has been in jail for ten years now.", "luganda": "Abadde mu kkomera okumala emyaka kkumi." }, { "english": "The program is broadcast live every weekend.", "luganda": "Pulogulamu eyo ebaako ku mpewo ku buli wiikendi." }, { "english": "She owns one of the most prominent radio stations.", "luganda": "Ye nnanyini emu ku laadiyo ezisinga obuganzi." }, { "english": "Every smartphone can have access to the internet.", "luganda": "Buli ssimu ey'okuseereza esobola okubaako yintaneeti." }, { "english": "I now prefer to purchase unlimited internet bundles.", "luganda": "Kati njagala nnyo okugula bando za yintaneeti ezitaliiko kkomo." }, { "english": "Boxers use a lot of energy.", "luganda": "Abakubi b'ebikonde bakozesa amaanyi mangi." }, { "english": "Our wedding date was postponed due to the sudden lockdown.", "luganda": "Embaga yaffe yayongerwayo olw'omuggalo ogwajja embagirawo." }, { "english": "Sewerage management assists in preventing diseases.", "luganda": "Enteekateeka ekwata ku kazambi eyamba nnyo okutangira enddwadde." }, { "english": "Centenary park is located along Kampala-Jinja road.", "luganda": "Centenary park eri ku kkubo eriva e Kampala okudda e Jjinja." }, { "english": "Part of our house is in the road reserve.", "luganda": "Ekitundu ku nnyumba yaffe kiri ku kibangirizi ky'ekkubo." }, { "english": "He can hardly afford to pay for his monthly rent.", "luganda": "Takyasobola kusasula ssente za bupangisa." }, { "english": "Landlords have all the right to make decisions over their property.", "luganda": "Bannanyini mayumba balina obuyinza bwonna okusalawo ebikwata ku mayumba gaabwe." }, { "english": "Who are some of the people that received heroes' medals?", "luganda": "Abamu ku bantu abaafuna emidaali ku lunaku lw'abazira be baani?" }, { "english": "How do we benefit from this project?", "luganda": "Pulojekiti eno tugiganyulwamu tuya?" }, { "english": "The Christmas season is a celebration time for most people.", "luganda": "Abantu abasinga obungi baba mu masanyu mu kiseera kya ssekkukkulu." }, { "english": "Most of the famous big people in the political party will not be contesting.", "luganda": "Abanene abasinga obungi abaattikirivu mu kibiina ky'eby'obufuzi tebajja kwesimbawo." }, { "english": "The supporters said the Electoral Commission had made up the election results.", "luganda": "Abawagizi baagamba nti Akakiiko k'Eby'okulonda kaajingirira ebyava mu kulonda." }, { "english": "Some family heads have failed to feed their families because of the lockdown.", "luganda": "Emitwe gy'amaka bangi balemereddwa okuliisa ab'omu maka gaabwe olw'omuggalo." }, { "english": "There are land disputes in the Northern part of Uganda.", "luganda": "Mu Mambuka ga Uganda waliwo enkayaana nnyingi ezikwata ku ttaka." }, { "english": "The leaders called for a public meeting over the ongoing land wrangles.", "luganda": "Abakulembeze baayita abantu ku lukungaana basobole okwogera ku nkayaana ezikwata ku ttaka eziri mu kitundu." }, { "english": "There will be a land survey meeting tomorrow.", "luganda": "Wajja kubaawo olukungaana enkya olukwata ku kupunta ettaka." }, { "english": "Preparations to solve land disputes in Amuru are ongoing.", "luganda": "Enteekateeka z'okugonjoola enkayaana ezikwata ku ttaka mu Amuru zigenda mu maaso." }, { "english": "Locals are not in support of individuals participating in the exercise.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu tebawagira kya bantu kinnoomu okwenyigira mu nteekateeka eyo." }, { "english": "Party members are not satisfied with the laws governing the party.", "luganda": "Bamemba mu kibiina si bamativu n'amateeka agafuga ekibiina." }, { "english": "He made an in-depth study of the political party.", "luganda": "Yeekenneenya ekibiina ky'eby'obufuzi." }, { "english": "The tribal wars in Northern Uganda still exist.", "luganda": "Entalo z'amawanga mu Mambuka ga Uganda zikyaliwo." }, { "english": "Elections for district leaders are yet to start in Tororo District.", "luganda": "Okulonda abakulembeze ba disitulikiti mu disitulikiti y'e Tororo tekunnabaawo." }, { "english": "Many of the vendors still fight the city council authorities.", "luganda": "Abasuubuzi bangi mu Kampala bakyalwanyisa abo abakwasisa amateeka." }, { "english": "Street vendors always cause harm to themselves while escaping the police.", "luganda": "Abasuubuzi bangi batera okwetuusaako obuvune nga badduka poliisi." }, { "english": "Street vendors have continued to illegally operate in the city center.", "luganda": "Abasuubuzi bangi beeyongedde okukola mu ngeri emmenya amateeka mu kibuga." }, { "english": "Laws regarding possession of weapons need to be strengthened in the country.", "luganda": "Amateeka agakwata ku kuba n'ekissi galina okwongera okunywezebwa mu ggwanga." }, { "english": "The General didn't act according to the law.", "luganda": "Generali yeeyisa mu ngeri emmenya amateeka." }, { "english": "This is a biography about a man that moved from one job to another.", "luganda": "Bino bikwata ku bulamu bw'omusajja eyalekanga omulimu ogumu n'adda ku mulala." }, { "english": "He has embraced technology and merged it with business.", "luganda": "Yeenyigidde nnyo mu bya tekinologiya era abikozesa nnyo mu bizineesi ye." }, { "english": "He emerged among the best young entrepreneurs at the awards yesterday.", "luganda": "Yabadde omu ku bavubuka abatandiseewo bizineesi abaaweereddwa jjo ebirabo." }, { "english": "It is evident that young people have also ventured into entrepreneurship.", "luganda": "Kyeraga kaati nti n'abavubuka batandiseewo bizineesi." }, { "english": "The minister will be in Northern Uganda to solve land disputes.", "luganda": "Minisita ajja kuba mu Mambuka ga Uganda okusobola okugonjoola enkayaana ezikwata ku ttaka." }, { "english": "Some people believe that the land is being sold to foreign investors.", "luganda": "Abantu abamu balowooza nti ettaka litundibwa eri abasigansimbi abava ebweru wa Uganda." }, { "english": "Some leaders in this country do not acceptably conduct themselves.", "luganda": "Abakulembeze abamu mu ggwanga lino beeyisa mu ngeri etali nnungi." }, { "english": "Ugandan youth are not satisfied with the Ministers that were appointed.", "luganda": "Abavubuka mu Uganda si bamativu olwa baminisita abaalondebwa." }, { "english": "These events have always come up during this time.", "luganda": "Emikolo gino gitera kubaawo mu kiseera nga kino." }, { "english": "Some parts of this country still have people living miserably.", "luganda": "Mu bitundu ebimu eby'eggwanga lino ekyaliyo abantu abali obubi ennyo." }, { "english": "The people in this area rely on the little money earned from stone quarrying.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu kino beemalidde ku ssente entono ze bafuna okuva mu kukuba amayinja." }, { "english": "He made a physical visit to the village to gather more information.", "luganda": "Yeetuukira mu kyalo asobole okumanya ebisingawo." }, { "english": "It is becoming expensive to live in Isingiro District.", "luganda": "Kyetaagisa ssente nnyingi okubeera mu disitulikiti y'e Isingiro." }, { "english": "Environmental conservation is key in a country's development.", "luganda": "Okukuuma obutonde bw'ensi kikulu nnyo mu nkulaakulana y'eggwanga." }, { "english": "Cases of defilement are on the rise in Kasese District.", "luganda": "Emisango egyekuusa ku buliisamaanyi gigenda gyeyongerayongera mu disitulikiti y'e Kasese." }, { "english": "The organization is seeking justice for all the girls who were defiled.", "luganda": "Ekibiina kyagala abawala bonna abasobezebwako bafune obwenkanya." }, { "english": "The national football team acquired a new head coach ahead of the tournament.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira ey'eggwanga effunye omutendesi omupya ng'empaka tezinnatandika." }, { "english": "The violence in Amuru was caused by the Minister forcefully taking people's land.", "luganda": "Olutalo olwali mu Amuru lwaleetebwawo minisita eyali akozesa amaanyi okutwala ettaka ly'abantu." }, { "english": "Women in Northern Uganda protested against land grabbing.", "luganda": "Abakazi ab'omu Mambuka ga Uganda beekalakasa olw'ekibba ttaka." }, { "english": "The journalists made a report while they were in Gulu.", "luganda": "Bannamawulire baakola alipoota nga bali Gulu." }, { "english": "The winner of the national election was announced hours after the election.", "luganda": "Oyo eyawangula okulonda yalangirirwa amangu ddala ng'okulonda kuwedde." }, { "english": "All presidential candidates had arrived at Bombas ground by 3 pm.", "luganda": "Abo bonna abaali beesimbyewo okuvuganya ku ntebe ya pulezidenti baatuuka mu kifo ekiyitibwa Bombas ground ku ssaawa mwenda ez'olweggulo." }, { "english": "The deputy elect to the president physically attended the event.", "luganda": "Omummyuka wa pulezidenti eyalondebwa naye yaliwo." }, { "english": "The president did not appear at the event.", "luganda": "Pulezidenti teyaliiwo." }, { "english": "We are yet to establish why the country is living in fear.", "luganda": "Tetunnamanya nsonga lwaki ensi eri mu kutya." }, { "english": "To reduce the voter's anxiety the electoral commission kept releasing partial results.", "luganda": "Okusobola okukendeeza obunkenke obwali mu balonzi akakiiko akakola ku by'okulonda kaafulumyanga bitonotono ku ebyo ebyali bivudde mu kulonda." }, { "english": "The church came out to say that they don't support the land amendment bill.", "luganda": "Ekkanisa yavaayo n'egamba nti tekkiriziganya na kya kukola nnoongosereza mu tteeka ly'ettaka." }, { "english": "They have been called upon to fight the proposed law.", "luganda": "Bakowoleddwa balwanyise etteeka eryo." }, { "english": "Construction of the new big prison facility is underway.", "luganda": "Okuzimba ekkomera eppya eddene kugenda mu maaso." }, { "english": "The prison facility will host a large number of inmates serving long sentences.", "luganda": "Ekkomera eryo lijja kubaamu abasibe bangi abali ku bibonerezo eby'okusibibwa okumala emyaka mingi." }, { "english": "They are trying to fight the production of fake products.", "luganda": "Bagezaako okulwanyisa abo abakola ebituntu ebitatuukana na mutindo." }, { "english": "There is still production of fake products on the market.", "luganda": "Mu katale wakyaliyo ebintu ebitatuukana na mutindo ebitundibwa." }, { "english": "Police arrested most of the opposition leaders.", "luganda": "Poliisi yakwata abasinga obungi ku bakulembeze abali ku ludda oluvuganya gavumenti." }, { "english": "The party requested for permission to carry out their demonstration.", "luganda": "Ekibiina ky'eby'obufuzi kyasaba olukusa okwekalakasa." }, { "english": "The police arrested locals for failing to preserve natural resources.", "luganda": "Poliis yakwata abantu b'omu kitundu olw'okulemererwa okukuuma eby'obugagga eby'omu ttaka." }, { "english": "Government officials have spearheaded the fight against environmental degradation.", "luganda": "Abakungu ba gavumenti bawomye omutwe mu lutalo lw'okulwanyisa abo aboonoona obutonde bw'ensi." }, { "english": "Several deaths among pregnant mothers have been caused by abortions.", "luganda": "Abakazi bangi abali embuto bafa lwa kuziggyamu." }, { "english": "The law on abortion in Uganda is not favorable for many women.", "luganda": "Abakazi bangi mu Uganda tebaagala tteeka erikwata ku kuggyamu mbuto." }, { "english": "He tasked the center to produce competent lawyers at the end of the program.", "luganda": "Yasoomooza ekitebbe kiveeyo ne bannamateeka abalina ebisaanyizo n'obumanyiru ku nkomerero ya pulogulaamu." }, { "english": "Lawyers have continued to misuse their profession.", "luganda": "Bannamateeka beeyongedde okukozesa obubi omulimu guno gwe baasomerera." }, { "english": "He addressed the administration of the Law Development Center this morning.", "luganda": "Ku makya ga leero yayogedde eri abakulira Law Developmenti Center." }, { "english": "The lawmakers have been asked to prioritize matters of the youth.", "luganda": "Ababaka ba palamenti bakubiriziddwa okukulembeza ensonga ezikwata ku bavubuka." }, { "english": "The youth have not been given all the support they need to become successful.", "luganda": "Abavubuka tebaweereddwa buyambi bwe beetaaga okusobola okutuuka ku buwanguzi." }, { "english": "The speaker represented the country at a conference held in Midrand.", "luganda": "Omwogezi wa palamenti yakiikirira eggwanga mu lukungaana olwali e Midrand." }, { "english": "The conference focused on empowering the youth.", "luganda": "Olukungaana olwo lwassa essira ku nsonga y'okuwa abavubuka obuyinza." }, { "english": "How long does it take the court to solve election petitions?", "luganda": "Kkooti kigitwalira bbangi ki okukola ku misango egikwata ku kujulira ebyava mu kulonda." }, { "english": "What are parliamentary election cases?", "luganda": "Emisango egikwata ku kulonda ababaka ba palamenti gye giruwa?" }, { "english": "Many people have doubts about the results of the parliamentary elections.", "luganda": "Abantu bangi babuusabuusa ebyava mu kulonda ababaka ba palamenti." }, { "english": "There has been an effort to draft laws that govern land in this country.", "luganda": "Wabaddewo okufuba kwa maanyi okubaga amateeka agafuga ettaka mu ggwanga." }, { "english": "Cases regarding land are on the rise due to mismanagement.", "luganda": "Emisango egyekuusa ku ttaka gigenda gyeyongera olw'enkola etali nnungi." }, { "english": "Tribalism is still being practiced in Kenya today.", "luganda": "Obusosoze mu mawanga e Kenya bukyaliyo n'okutuusa leero." }, { "english": "Kenya's elections resulted into violence.", "luganda": "Okulonda kw'e Kenya kwavaamu ebikolwa eby'obukambwe." }, { "english": "An in-depth study on recent violence in the country is being carried out.", "luganda": "Okwekennenya ebyaviirako ebikolwa ey'obukambwe mu ggwanga gye buvuddeko awo kukyagenda mu maaso." }, { "english": "The public has failed to work with the city council authority.", "luganda": "Abantu balemereddwa okukolera awamu n'ab'obuyinza okuva mu lukiiko olufuga ekibuga." }, { "english": "The city council authorities fear for their lives as their job has become dangerous.", "luganda": "Ab'obuyinza okuva mu lukiiko olufuga ekibuga beeraliikirivu kubanga omulimu gwabwe kati gufuuse gwa kabi eri obulamu bwabwe." }, { "english": "The fight against the age limit bill continues.", "luganda": "Olutalo lukyagenda mu maaso ku bbago ly'etteeka erikwata ku kussa ekkomo ku myaka." }, { "english": "Police continues to arrest top politicians in the country.", "luganda": "Poliisi ekyakwata bannabyabufuzi ab'amaanyi mu ggwanga." }, { "english": "Many new businesses have challenges with sustainability.", "luganda": "Bizineesi nnyingi empya zirina ekizibu eky'okuziyimirizaawo." }, { "english": "Businesses need to adopt new forms of income generation.", "luganda": "Bizineesi zirina okufuna enkola empya ekwata ku by'ennyingiza." }, { "english": "All elections in Kenya are conducted by the Electoral Boundaries Commission.", "luganda": "Okulonda kwonna mu Kenya kukubirizibwa akakiiko k'eby'okulonda akayitibwa Electoral Boundaries Commission." }, { "english": "He decided to stay quiet during the announcement of the election results.", "luganda": "Yasalawo kusirika busirisi mu kiseera bwe baali balangirira ebyava mu kulonda." }, { "english": "He is being accused of defrauding Bank of Uganda.", "luganda": "Avunaanibwa gwa kubba Bbanka ya Uganda Enkulu." }, { "english": "Another form of conflict resolution which is mediation is being explored.", "luganda": "Engeri endala ey'okugonjoolamu ekizibu era nga banoonya engeri y'okukikwanaganyaamu." }, { "english": "The accused person is not in support of mediation.", "luganda": "Oyo avunaanibwa takkiriziganya na kya kussaawo anaakwanaganya." }, { "english": "Uganda has lost one of the soldiers that fought for her peace and stability.", "luganda": "Uganda efiiriddwa omu ku bajaasi abaalwanirira eddembe n'obutebenkevu bwaayo." }, { "english": "He was a member of the ruling party before his death.", "luganda": "Nga tannafa yali memba mu kibiina ekifuga." }, { "english": "His life will be celebrated at the cathedral.", "luganda": "Obulamu bwe bujja kujjukirwa mu cathedral" }, { "english": "She made a detailed report on the matter.", "luganda": "Omukyala oyo yawa alipoota mpanvu nnyo ku nsonga eyo." }, { "english": "The Ugandan Table Tennis player will move to Germany for a training camp.", "luganda": "Omuzannyi wa Uganda owa Table Tennis ajja kugenda okutendekebwa mu Germany." }, { "english": "He can’t be compared to any other male player in the country.", "luganda": "Tayinza kugeraageranyizibwa ku muzannyi yenna omusajja mu ggwanga." }, { "english": "A joint verification committee will decide on which Ugandan traders shall be compensated.", "luganda": "Wajja kubaawo akakiiko ak'awamu akajja okwekenneenya kasalewo basuubuzi ki mu Uganda abanaaliyirirwa." }, { "english": "Thursday next week marks the beginning of the verification of Ugandan traders by committee members.", "luganda": "Olwokuna olujja akakiiko lwe kajja okutandika okwekenneenya abusuubuzi b'omu Uganda." }, { "english": "The new Federation of Uganda Football Associations appointed a new president.", "luganda": "Ekibiina ekipya eky'abazannyi b'omupiira mu Uganda kyalonze pulezidenti waakyo omupya." }, { "english": "Football is one of the most sought-after sports in this country.", "luganda": "Omupiira gwe gumu ku mizannyo egisinga okwagalibwa mu ggwanga lino." }, { "english": "Cross-border movement between Uganda and Kenya is a result of the elections.", "luganda": "Abantu okudda eno n'eri ku nsalo ya Uganda ne Kenya kizzeewo lwa kulonda." }, { "english": "Cargo Drivers fled to Uganda because of the political atmosphere in Kenya.", "luganda": "Abavuzi b'emmotoka ennettisi z'emiggugu baddukidde mu Uganda olw'embeera y'eby'obufuzi eri mu Kenya." }, { "english": "He came second to his main challenger in the presidential race.", "luganda": "Y'abadde ow'okubiri mu lwokaano lw'okulonda pulezidenti." }, { "english": "The constitution doesn't permit him to stand for the presidency after this election.", "luganda": "Ssemateeka tamukkiriza kuddamu kwesimbawo kuvuganya mu kifo kya pulezidenti oluvannyuma lw'okulonda kuno." }, { "english": "She presented a report on the opposition leader's failed attempt at the presidency.", "luganda": "Yawa alipoota ekwata ku ngeri ab'oludda oluvuganya gye balemereddwamu mu lwokaano lw'abo abaagala okuba bapulezidenti." }, { "english": "The authority has lost so much money to tax debtors.", "luganda": "Ekitongole kifiiriddwa ssente nnyingi nnyo olw'abo abatannawa misolo." }, { "english": "Some traders are taking advantage of the corrupt system not to pay their taxes.", "luganda": "Abasuubuzi abamu beeyambisizza enkola embi eriwo ne batasasula misolo gyabwe." }, { "english": "They were caught with fake documents.", "luganda": "Baasangibwa n'ebiwandiiko ebigingirire." }, { "english": "There is a misunderstanding between the refugees and locals over the forest resources.", "luganda": "Waliwo obutakwatagana wakati w'abanoonyi b'obubudamo n'abatuze ku bikwata ku bintu ebiva mu kibira." }, { "english": "Road construction works are very expensive.", "luganda": "Kitwala ssente nnyingi nnyo okuzimba amakubo." }, { "english": "I love to visit beautiful places.", "luganda": "Njagala nnyo okukyala mu bifo ebirabika obulungi." }, { "english": "Sometimes the police behave in a very brutal way.", "luganda": "Oluusi abapoliisi baba bakambwe nnyo." }, { "english": "Leaders are accountable to the people they lead.", "luganda": "Abakulembeze bavunaanyizibwa eri abantu be bakulembera." }, { "english": "The girls have been skilled with hairdressing and tailoring skills.", "luganda": "Abawala babanguliddwa mu by'okusiba enviiri n'okutunga." }, { "english": "I did not understand the explanation.", "luganda": "Ennyinnyonnyola saagitegedde." }, { "english": "What time does the news start?", "luganda": "Amawulire gatandika ssaawa mmeka?" }, { "english": "Uganda still has plenty of land for development.", "luganda": "Uganda ekyalina ettaka ddene eririna okukulaakulanyizibwa." }, { "english": "Some of the cars on the road are in a very poor state.", "luganda": "Emmotokka ezimu ezitambulira ku nguudo ziri mu mbeera mbi nnyo." }, { "english": "We bought a brand new family car this year.", "luganda": "Omwaka guno twagula emmotoka empya." }, { "english": "The public has been sensitized on how to prevent coronavirus.", "luganda": "Abantu bayigiriziddwa ku ngeri y'okwewalamu ekirwadde kya korona." }, { "english": "I own a piggery farm.", "luganda": "Nnina faamu y'embizzi." }, { "english": "A good judgment should be fair and unbiased.", "luganda": "Omusango okuba nga gusaliddwa bulungi tegulina kubaamu kyekubiira." }, { "english": "A good employer is one that pays his or her workers on time.", "luganda": "Omukozesa omulungi y'oyo asasula abo b'akozesa mu kiseera ekituufu." }, { "english": "What makes him a very prominent businessman?", "luganda": "Kiki ekimufuula okuba omusuubuzi omwatiikirivu?" }, { "english": "Some of the youths have joined boxing.", "luganda": "Abamu ku bavubuka bagenze kuyiga kukuba bikonde." }, { "english": "She is a talented musician.", "luganda": "Alina ekitone mu kuyimba." }, { "english": "A lot has changed in your absentia.", "luganda": "Bingi nnyo ebikyuse w'otabeereddewo." }, { "english": "Her brother is now a kickboxer.", "luganda": "Mwannyina kati mukubi wa bikonde ow'ensambagere." }, { "english": "His dream is to become a movie star in the future.", "luganda": "Alina kiruubirirwa kya kufuuka muzannyi wa ffirimu." }, { "english": "Who won the boxing championship?", "luganda": "Ani yawangula ekya balunywera mu kukuba ebikonde?" }, { "english": "How many players are on a football team?", "luganda": "Ttiimu y'omupiira ebaamu abazannyi bameka?" }, { "english": "I want to learn how to play football.", "luganda": "Njagala kuyiga kuzannya mupiira." }, { "english": "We shall play a friendly match with the other team.", "luganda": "Tujja kuzannya gwa mukwano ne ttiimu eri endala." }, { "english": "He works in the bank.", "luganda": "Akola mu bbanka." }, { "english": "Money laundering is an illegal activity.", "luganda": "Kimenya mateeka obutayogera ssente gye ziba zivudde." }, { "english": "She is very fluent in Swahili.", "luganda": "Ayogera bulungi Oluswayiri." }, { "english": "New leaders were sworn into new positions of power.", "luganda": "Abakulembeze abapya baalayizibwa." }, { "english": "Hospitals help in saving people's lives.", "luganda": "Amalwaliro gayamba mu kuwonyaawo obulamu bw'abantu." }, { "english": "What are some of the non-communicable diseases?", "luganda": "Ezimu ku ndwadde ezitasiiga balala ze ziruwa?" }, { "english": "In some families fathers are the sole providers.", "luganda": "Mu maka agamu bataata bokka be bakola ssente ezikozesebwa awaka." }, { "english": "Some people have been assassinated in broad daylight.", "luganda": "Abantu abamu battiddwa misana ttuku." }, { "english": "How many members are in the choir?", "luganda": "Mu kwaaya mulimu abayimbi bameka?" }, { "english": "The choir from Masaka Archdiocese sang during this year's scientific martyr's day celebrations.", "luganda": "Kwaaya y'e Masaka ye yayimba ku lunaku lw'okujjukirirako abajulizi omwaka guno era nga kino kyakolebwa mu ngeri ya sayansi." }, { "english": "The rehearsals were very successful.", "luganda": "Okwegezaamu kwagenda bulungi." }, { "english": "Workers need to execute their duties with all due diligence.", "luganda": "Abakozi kibetaagisa okukola emirimu gyabwe n'obunyiikivu." }, { "english": "Land cases should be taken to court.", "luganda": "Emisango gy'eby'ettaka girina kutwalibwa mu kkooti." }, { "english": "Traffic officers provide traffic guidelines on the road.", "luganda": "Abapoliisi y'ebidduka bawa obulagirizi obukwata ku ntambula y'ebidduka ku nguudo." }, { "english": "What is the route to Namugongo shrines?", "luganda": "Kkubo ki eridda e Namugongo ku kiggwa ky'abajulizi?" }, { "english": "I visited the Namugongo shrines last martyr's day.", "luganda": "Nnakyalako e Namugongo ku lunaku lw'abajulizi omwaka oguwedde." }, { "english": "Some people tend not to fulfill their pledges.", "luganda": "Abantu abamu balina enkola ey'obutatuukiriza kye baba beeyamye." }, { "english": "What do we find in the Uganda martyrs museum?", "luganda": "Biki ebisangibwa mu kifo ky'abajulizi omuterekebwa ebintu eby'edda?" }, { "english": "It is good to appreciate others.", "luganda": "Kiba kirungi okusiima abalala." }, { "english": "There is an increasing income inequality gap in Uganda.", "luganda": "Obuteenkanankana mu by'enfuna bya Uganda bweyongera bweyongezi." }, { "english": "Different people earn differently depending on their roles and responsibilities.", "luganda": "Abantu ab'enjawulo bafuna ssente za njawulo okusinziira ku bintu eby'enjawulo bye bakola." }, { "english": "Please go and consult her.", "luganda": "Genda omwebuuzeeko." }, { "english": "The electoral commission is in charge of nominating political candidates.", "luganda": "Akakiiko akakola ku by'okulonda ke kalina obuvunaanyizibwa okusunsulamu abo abanneesimbawo mu by'obufuzi." }, { "english": "How many presidential candidates were nominated?", "luganda": "Bameka abanneesimbawo mu kifo kya pulezidenti abaasunsulibwamu?" }, { "english": "The supporters reacted violently towards the arrest of their favorite politician.", "luganda": "Abawagizi baayoleka ebikolwa eby'obukambwe bwe baakwata munnabyabufuzi gwebaagala." }, { "english": "News keeps us informed about very many things.", "luganda": "Amawulire gatuyamba okumanya ebintu bingi." }, { "english": "My uncle is a missionary preacher.", "luganda": "Kkojja wange mubuulizi omuminsani." }, { "english": "You reap what you sow.", "luganda": "Ky'osiga ky'okungula." }, { "english": "Muslims pray from the mosque while Christians pray from the church.", "luganda": "Abasiraamu basabira ku muzikiti ate Abakristaayo basabira mu kkanisa." }, { "english": "We celebrated our father on father's day.", "luganda": "Twalina omukolo ogw'okujjukira kitaafe ku lunaku lwa bataata." }, { "english": "There is difficulty in delivering better services in the capital city.", "luganda": "Kizibu okutuusa ku bantu obuweereza obulungi mu kibuga ekikulu." }, { "english": "There is a need to develop other regions in the country.", "luganda": "Waliwo obwetaavu bw'okukulaakulanya ebitundu ebirala mu ggwanga." }, { "english": "The heavy rains distorted the mass as pilgrims fled in search of shelter.", "luganda": "Enkuba eyafuddemba yataataaganya emisa era abalamazi ne badduka okwegama." }, { "english": "Entrepreneurs seize available business opportunities.", "luganda": "Abo abatandikawo bizineesi bakozesa akakisa akaba kaliwo." }, { "english": "The Electoral Commission is to conduct a fresh election for that constituency.", "luganda": "Akakiiko akakola ku by'okulonda kajja kuteekateeka okulonda okulala mu kitundu ekyo." }, { "english": "He stole the votes.", "luganda": "Yabba obululu." }, { "english": "The electoral commission has officially allowed politicians to campaign.", "luganda": "Akakiiko akakola ku by'okulonda mu butongole kakkiriza bannabyabufuzi okutandika okukuba kampeyini." }, { "english": "He lost interest in the race.", "luganda": "Yeetamwa n'ava mu lwokaano." }, { "english": "The court has confirmed their innocence.", "luganda": "Kkooti ekikakasizza nti tebalina musango." }, { "english": "They were released on bail.", "luganda": "Baateebwa ku kakalu ka kkooti." }, { "english": "The investigations were carried out last year.", "luganda": "Okunoonyereza kwakolebwa omwaka oguwedde." }, { "english": "He reports about the history of the Ugandan Martyrs.", "luganda": "Awa alipoota ekwata ku byafaayo by'abajulizi ba Uganda." }, { "english": "They said that he was innovative creative and kind.", "luganda": "Baagamba nti yali muteeteenkanya muyiiya era nga wa kisa." }, { "english": "What happened during the funeral service?", "luganda": "Kiki ekyaliwo mu kiseera ky'okuziika?" }, { "english": "The orphans were to remain under their mother's care.", "luganda": "Bamulekwa baali bakulabirirwa nnyaabwe." }, { "english": "She presented a report.", "luganda": "Yasoma alipoota." }, { "english": "The early missionaries spread Christianity in Uganda.", "luganda": "Abaminsani abaasooka baabunyisa Obukristaayo mu Uganda." }, { "english": "The Uganda martyrs are part of Uganda's history.", "luganda": "Abajulizi ba Uganda be bamu ku abo abakola ebyafaayo bya Uganda." }, { "english": "The catholic church has been in service for centuries.", "luganda": "Ekereziya y'Abakatoliki emaze ebyasa bingi ng'eweereza." }, { "english": "All security agencies provide security to the people.", "luganda": "Ebitongole by'okwerinda byonna biwa abantu obukuumi." }, { "english": "The police protects people and their property.", "luganda": "Poliisi ekuuma abantu n'ebyabwe." }, { "english": "How did the martyrs die?", "luganda": "Abajulizi baafa batya?" }, { "english": "Most of the Uganda Martyrs were Anglicans.", "luganda": "Abasinga obungi ku bajulizi ba Uganda baali ba Angilikani." }, { "english": "She found out why he cheated.", "luganda": "Yamanya ensonga lwaki omwami we yayenda." }, { "english": "Martyrs day is a public holiday in Uganda.", "luganda": "Olunaku lw'abajulizi luba lunaku lwa kuwummula mu Uganda." }, { "english": "Alcohol is not for those under the age of eighteen years.", "luganda": "Omwenge tegukkirizibwa kunywebwa abo abali wansi w'emyaka kkumi na munaana." }, { "english": "Tourists come from all over the world to visit the Namugongo shrines.", "luganda": "Abalambuzi bava mu nsi yonna okulambula ebiggwa by'abajulizi e Namugongo." }, { "english": "He left prison with scars all over his body.", "luganda": "Yava mu kkomera ng'ajjudde enkovu ku mubiri ggwe gwonna." }, { "english": "Every area has a police station.", "luganda": "Mu buli kifo waliwo poliisi." }, { "english": "How many people attended the meeting?", "luganda": "Bantu bameka abaali mu lukungaana." }, { "english": "Parliament approved all the ministers appointed by the president.", "luganda": "Palamenti yakakasa baminisita bonna pulezidenti be yalonda." }, { "english": "How many members are part of the committee?", "luganda": "Mu kakiiko mulimu bamemba bameka?" }, { "english": "All security officers are legally allowed to hold and use guns while on duty.", "luganda": "Ab'eby'okwerinda bonna bakkirizibwa mu mateeka okuba n'emundu era n'okuzikozesa nga bali ku mirimu." }, { "english": "The case has been adjourned until further notice.", "luganda": "Omusango guyimiriziddwa okutuusa lwe balitegeezebwa olunaku olulala." }, { "english": "Internal conflicts hinder unity and growth.", "luganda": "Entalo ez'omunda ziremesa obumu n'enkulaakulana." }, { "english": "Everyone has a right to vote for the candidate of their choice.", "luganda": "Buli muntu wa ddembe okulonda omuntu eyeesimbyewo gw'ayagala." }, { "english": "A bigger proportion of Uganda's population is youths.", "luganda": "Abavubuka be basinga obungi mu bantu bonna abali mu Uganda." }, { "english": "He is one of the suspected criminals.", "luganda": "Y'omu ku abo abateeberezebwa okuba abamenyi b'amateeka." }, { "english": "He campaigned in all parts of the country.", "luganda": "Yakuba kampeyini mu bitundu byonna eby'eggwanga." }, { "english": "I shall travel to the village next week.", "luganda": "Wiiki ejja njakugenda mu kyalo." }, { "english": "The village chairperson connived with land robbers to steal residents' land.", "luganda": "Ssentebe w'ekyalo yeekobaana n'ababbi b'ettaka okubba ettaka ly'abatuuze." }, { "english": "What is the role of local councils?", "luganda": "Akakiiko k'ekyalo kalina mulimu ki?" }, { "english": "The national budget is passed every financial year.", "luganda": "Embalirira y'eggwanga eyisibwa mu buli mwaka gw'eby'ensimbi." }, { "english": "Due to the prevalence of the pandemic the country's economy has been greatly affected.", "luganda": "Ekirwadde kino kikosezza nnyo eby'enfuna by'eggwanga." }, { "english": "It is the responsibility of the citizens to pay taxes set by the government.", "luganda": "Buvunaanyizibwa bw'abatuuze okusasula emisolo gavumenti gy'eba ettaddewo." }, { "english": "She does not know administration and law.", "luganda": "Talina bumanyirivu ku mateeka n'engeri y'okukulemberamu abalala." }, { "english": "Journalists play a very important role.", "luganda": "Bannamawulire bakola omulimu gwa maanyi." }, { "english": "The Kabaka of Buganda is a wealthy man.", "luganda": "Kabaka wa Buganda musajja mugagga nnyo." }, { "english": "The fertile land in Uganda has facilitated crop husbandry.", "luganda": "Ettaka egimu mu Uganda lisobozesa ebirime okuba ebirungi." }, { "english": "The teacher explained the topic very well.", "luganda": "Omusomesa yannyonnyola bulungi ensonga." }, { "english": "The ministry of lands is entrusted to assist in solving land issues.", "luganda": "Minisitule y'eby'ettaka yaweebwa obuvunaanyizibwa okugonjoola ensonga ezikwata ku ttaka." }, { "english": "I explored through the town before settling there.", "luganda": "Nnalambula ekibuga kyonna bwe nnali nga sinnakikkaliramu." }, { "english": "Bloodshed is a threat to the security of this area.", "luganda": "Okuyiwa omusaayi kitiisa nnyo eby'okwerinda by'eggwanga lino." }, { "english": "Very many people suffer as a result of their ignorance.", "luganda": "Abantu bangi babonaabona lwa butamanya." }, { "english": "Do not involve yourself in other people's battles.", "luganda": "Teweeyingiza mu ntalo z'abalala." }, { "english": "The constitution gives proper guidelines on how some things should be done.", "luganda": "Ssemateeka awa obulagirizi ku ngeri ebintu ebimu gye birina okukolebwamu." }, { "english": "The landowners must have proof of ownership.", "luganda": "Bannanyini ttaka balina okuba n'obukakafu obulaga nti ettaka lyabwe." }, { "english": "My phone can only contain one sim card.", "luganda": "Essimu yange egendamu kaadi y'essimu emu." }, { "english": "Make sure your sim card is registered in your name.", "luganda": "Kakasa nti kaadi yo ey'essimu mpandiise." }, { "english": "I deposit my monthly savings in the bank.", "luganda": "Buli mwezi ssente ze nterekawo nzitwala mu bbanka." }, { "english": "What punishment is given to those that dishonor court orders?", "luganda": "Kibonerezo ki ekiweebwa abo abanyooma ekiragiro kya kkooti?" }, { "english": "What is your response to this?", "luganda": "Kiki ky'ogamba ku nsonga eno?" }, { "english": "Shall land wrangles ever end?", "luganda": "Enkayaana z'ettaka zirikoma?" }, { "english": "What is the root cause of their problems?", "luganda": "Ekizibu kyabwe kiva ku ki?" }, { "english": "What were the findings of your research?", "luganda": "Kiki kye mwazuula mu kunoonyereza kwammwe?" }, { "english": "He had to give the police officer money to be released from prison.", "luganda": "Yalina okuwa owa poliisi ssente asobole okuteebwa okuva mu kkomera." }, { "english": "Most of the corrupt officials are investigated by the anti-corruption unit.", "luganda": "Abasinga obungi ku bakulu abalya enguzi banoonyerezebwako ekitongole ekikola ku buli bw'enguzi." }, { "english": "People freely give bribes to traffic officers.", "luganda": "Abantu tebalonzalonza kuwa nguzi abapoliisi abakola ku bidduka." }, { "english": "The report did not provide the necessary details.", "luganda": "Alipoota teyali nnambulukufu bulungi." }, { "english": "He was the guild president of the university last academic year.", "luganda": "Ye yali omukulembeze w'abayizi ku Yunivasite omwaka oguwedde." }, { "english": "Eat well to keep a healthy body.", "luganda": "Lya bulungi osobole okuba omulamu obulungi." }, { "english": "What are some of the good healthy habits?", "luganda": "Ebimu ku bintu by'osaanidde okukola okuba omulamu obulungi bye biruwa?" }, { "english": "Most families do not have what to eat during this lockdown.", "luganda": "Amaka mangi tegalina bya kulya mu kiseera kino eky'omuggalo." }, { "english": "Some diseases are a result of poor feeding.", "luganda": "Endwadde ezimu tuzifuna lwa ndya mbi." }, { "english": "Technology has simplified and eased life.", "luganda": "Tekinologiya agonzezza obulamu." }, { "english": "I drank tea with popcorns.", "luganda": "Nnanywa kyaayi n'emberenge." }, { "english": "He has been poor his entire life.", "luganda": "Abadde mwavu obulamu bwe bwonna." }, { "english": "My mother started up her own business.", "luganda": "Mmange yeetandikirawo bizineesi eyiye ku bubwe." }, { "english": "The country had presidential elections in January this year.", "luganda": "Eggwanga lyalimu okulonda kwa ba pulezidenti mu Jjanwali omwaka guno." }, { "english": "How does Uganda benefit from some of its partnerships?", "luganda": "Uganda egganyulwa etya mu bamu ku abo b'ekolagana nayo?" }, { "english": "The public is encouraged to report all crimes to the police.", "luganda": "Abantu bakubirizibwa okutegeeza poliisi ku buzzi bw'emisango obw'engeri yonna." }, { "english": "He is now a major general in the army.", "luganda": "Kati aweereza nga meeja generali mu maggye." }, { "english": "She was promoted at her workplace.", "luganda": "Yakuzibwa ku mulimu." }, { "english": "His brother serves in the army of Uganda.", "luganda": "Muganda we aweereza mu maggye." }, { "english": "He was reported to the police.", "luganda": "Yawawaabirwa ku poliisi." }, { "english": "There are many kinds of coronavirus treatment options.", "luganda": "Ensi erina ekiruubirirwa kya kukomya kirwadde kya korona." }, { "english": "A bigger percentage of the criminals are drug abusers.", "luganda": "Abamenyi b'amateeka abasinga obungi beebo abakozesa ebiragalalagala." }, { "english": "Most youths are introduced to drugs by their peers.", "luganda": "Abavubuka abasinga obungi bayigira ku bannaabwe okukozesa ebiragalaragala." }, { "english": "She is a mother of three.", "luganda": "Muzadde wa baana basatu." }, { "english": "Some people have continued to survive with the Human Immune Virus.", "luganda": "Abantu abamu beeyongedde okuba abalamu wadde nga balina ekirwadde kya mukenenya." }, { "english": "The Human Immune Virus is a deadly disease.", "luganda": "Ekirwadde kya mukenenya kitta." }, { "english": "How can we control the spread of the Human Immune Virus?", "luganda": "Tuyinza tutya okutangira okusaasana kw'ekirwadde kya mukenenya?" }, { "english": "The country holds presidential elections every after five years.", "luganda": "Buli luvannyuma lw'emyaka ettaano eggwanga libaamu okulonda kwa pulezidenti." }, { "english": "Who heads the Uganda Electoral commission?", "luganda": "Ani akulembera akakiiko k'eby'okulonda mu Uganda?" }, { "english": "Many people have lost their lives due to mob justice.", "luganda": "Abantu bangi bafiiriddwa obulamu bwabwe olw'abantu okutwalira amateeka mu ngalo." }, { "english": "The letter I received did not have any details of the sender.", "luganda": "Ebbaluwa gye nnafuna yali teraga bikwata ku oyo eyagimpeereza." }, { "english": "Every after an investigation the police give a report.", "luganda": "Poliisi bw'emala okukola okunoonyereza ewa alipoota yaayo." }, { "english": "What were the terms of the agreement?", "luganda": "Endagaano yalina bukwakulizo ki?" }, { "english": "Some programs have facilitated the development of rural areas.", "luganda": "Enteeteeka ezimu zireetedde ebitundu eby'omu byalo okukulaakulana." }, { "english": "Government organizations and projects are audited by the office of the Auditor-General.", "luganda": "Ebiwandiiko by'ebitongole bya gavumenti ne zipulojekiti byekenneenyezebwa ofiisi ya Ssababalirizi wa Gavumenti." }, { "english": "What is the importance of auditing an organization?", "luganda": "Muganyulo ki oguli mu kwekenneenya ebiwandiiko by'embalirira y'ekibiina kyonna?" }, { "english": "The prison spokesperson reported on the sick prisoners.", "luganda": "Omwogezi w'amakomera yawa alipoota ekwata ku basibe abalwadde." }, { "english": "How does police identify suspects from the community?", "luganda": "Poliisi emmanya etya abo abateeberezebwa okuba abamenyi b'amateeka mu kitundu?" }, { "english": "Investigations require adequate time.", "luganda": "Okunoonyereza kwetaagisa ekiseera ekimala." }, { "english": "Some dams help in generating hydroelectric power.", "luganda": "Amabibiro agamu gayamba mu kukola amasanyalaze." }, { "english": "He was hired to do the job in two weeks.", "luganda": "Yapangisibwa omulimu agukolere mu wiiki bbiri." }, { "english": "Everything should be included in the annual report.", "luganda": "Buli kimu kirina okubeera mu alipoota y'omwaka." }, { "english": "The court hearing starts today.", "luganda": "Leero kkooti lw'etandika okuwuliriza omusango." }, { "english": "The murderer was arrested and taken to Luzira prison.", "luganda": "Omutemu yakwatibwa era n'atwalibwa mu kkomera ly'e Luzira." }, { "english": "She described to me the whole scenario.", "luganda": "Yannyinnyola ebintu byonna nga bwe byali." }, { "english": "Some of the corona patients are receiving treatment from Namboole stadium.", "luganda": "Abamu ku balwadde b'ekirwadde kya korona bajjanjabirwa Namboole." }, { "english": "He wants to join the soccer team.", "luganda": "Ayagala kuyingira ttiimu y'omupiira." }, { "english": "He is a lawyer by profession.", "luganda": "Yasomerera kuba munnamateeka." }, { "english": "Government should prioritize the health sector especially during this pandemic season.", "luganda": "Gavumenti esaanidde ekulembeze kitongole ky'eby'obulamu nnaddala mu kiseera kino eky'ekirwadde." }, { "english": "Uganda has very many debts from other countries.", "luganda": "Uganda erina amabanja mangi ag'ensi endala." }, { "english": "My wedding budget is in millions of money.", "luganda": "Embalirira y'embaga yange ya bukadde na bukadde bw'ensimbi." }, { "english": "Uganda has in many instances received donations from other countries.", "luganda": "Emirundi mingi Uganda efunye obuyambi okuva mu nsi endala." }, { "english": "Food was distributed to several parts of the country in the first lockdown.", "luganda": "Mu muggalo ogwayita emmere yagabibwa mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu." }, { "english": "How much money was allocated to the tourism sector in this current budget?", "luganda": "Mu mbalirira eno eyakayita ekitongole ky'eby'obulambuzi kyaweebwa ssente mmeka?" }, { "english": "Ministries are funded by the government.", "luganda": "Ebitongole byonna gavumenti y'ebiwa ssente." }, { "english": "How do I write a report?", "luganda": "Alipoota ngiwandiike ntya?" }, { "english": "His business is strategically located.", "luganda": "Bizineesi ye eri mu kifo kirungi." }, { "english": "The president has a wonderful vision for the country.", "luganda": "Pulezidenti alina ekirowoozo ekirungi ennyo eri eggwanga lino." }, { "english": "The training will take two weeks.", "luganda": "Okutendekebwa kujja kutwala wiiki bbiri." }, { "english": "Hunger can lead to death.", "luganda": "Okulumwa enjala kuyinza okuviirako omuntu okufa." }, { "english": "I live in the northern part of Rubaga division.", "luganda": "Nze mbeera mu kitundu ekiri mumbuka ga Lubaga." }, { "english": "The prime minister offered Ugandans a coronavirus relief fund.", "luganda": "Ssabaminisita yawa Bannayuganda ssente ez'okubayambako mu kiseera ky'omuggalo gw'ekirwadde kya korona." }, { "english": "What is the role of the Inspector General of Police?", "luganda": "Ssabaduumizi wa poliisi alina mulimu ki?" }, { "english": "I can’t trust him anymore.", "luganda": "Siyinza kweyongera kumwesiga." }, { "english": "She falsely accused him of rape.", "luganda": "Yamuwaayiriza nti yamukwata lwa mpaka." }, { "english": "Indiscipline security officials are punishable by law.", "luganda": "Mu mateeka ab'eby'okwerinda abeeyisa obubi babonerezebwa." }, { "english": "Military soldiers hold guns.", "luganda": "Ab'amaggye bakwata e mundu." }, { "english": "He did not commit the offense even though there is no evidence.", "luganda": "Teyazza musango ogwo newakubadde nga tewaliiwo bujulizi." }, { "english": "He is a prominent businessman.", "luganda": "Musuubuzi omututumufu." }, { "english": "Journalists play a very important role in the country.", "luganda": "Bannamawulire balina omulimu munene mu ggwanga." }, { "english": "It is good to forgive those that have offended you.", "luganda": "Kiba kirungi okusonyiwa abo ababa bakuyiizizza." }, { "english": "The journalists were beaten by the police.", "luganda": "Bannamawulire baakubibwa poliisi." }, { "english": "Ugandans are fond of begging for food and money from the government during the lockdown.", "luganda": "Bannayuganda baagala nnyo okusabiriza gavumenti emmere ne ssente mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "The president can’t solve everything.", "luganda": "Pulezidenti tayinza kukola ku bizibu by'abantu byonna." }, { "english": "His wife is very calm.", "luganda": "Mukyala we mukkakkamu nnyo." }, { "english": "The public has a right to participate in elections.", "luganda": "Abantu baddembe okwenyigira mu kulonda." }, { "english": "What is the largest ethnic group in Uganda?", "luganda": "Ggwanga ki erisinga obunene mu Uganda?" }, { "english": "Due to the prevalence of coronavirus funds have been invested in buying vaccines.", "luganda": "Olw'ekirwadde kya korona ssente ziteekeddwa mu kugula eddagala erigema." }, { "english": "Most of the public hospitals in Uganda lack adequate medical equipment.", "luganda": "Amalwaliro ga gavumenti mangi mu Uganda tegalina bikozesebwa mu kujjanjaba." }, { "english": "What should be done to improve the health sector in Uganda?", "luganda": "Kiki ekisaanidde okukolebwa okutereeza ekitongole ky'eby'obulamu mu Uganda?" }, { "english": "There has been a drop in the number of coronavirus new cases.", "luganda": "Abantu abakwatibwa ekirwadde kya korona bakendedde obungi." }, { "english": "This cultural gathering is to show that these countries work together.", "luganda": "Enkungaana zino ez'ekinnansi zigendereddwamu kulaga nti ensi zino zikolagana." }, { "english": "The celebration gathers people from all three countries.", "luganda": "Omukolo guno gukungaanya abantu okuva mu mawanga gonsatule." }, { "english": "The festival is usually held in one of the countries every year.", "luganda": "Omukolo guno gutera kuba mu limu ku mawanga ago buli mwaka." }, { "english": "The leaders should work together to fight corruption.", "luganda": "Abakulembeze balina okukolera awamu okulwanyisa obuli bw'enguzi." }, { "english": "The cooperation unites regional leaders.", "luganda": "Enteekateeka eno egatta wamu abakulembeze abali mu kitundu kino." }, { "english": "The chiefs always conduct meetings.", "luganda": "Abaami batera okukubiriza enkungaana." }, { "english": "Many people lost their property.", "luganda": "Abantu bangi baafiirwa ebintu byabwe." }, { "english": "The ministry did not have enough funds.", "luganda": "Minisitule teyalina ssente zimala." }, { "english": "Affected families were given food and clothes.", "luganda": "Abantu abaakosebwa baaweebwa emmere ne ssente." }, { "english": "Many people's houses were destroyed.", "luganda": "Amayumba g'abantu mangi gaayonoonebwa." }, { "english": "Some believers were burned to death.", "luganda": "Abaakkiriza abamu baayokebwa omuliro ne bafa." }, { "english": "Some pastors are not on good terms with one another.", "luganda": "Abasumba abamu balina obutategeregana ne bannaabwe." }, { "english": "There are many health centers in the country.", "luganda": "Waliwo amalwaliro mangi mu ggwanga." }, { "english": "Most laboratories do not have enough testing kits.", "luganda": "Ebifo bingi omukebererwa omusaayi tebirina bikozesebwa mu kukebera." }, { "english": "There are few laboratory technicians in this nation.", "luganda": "Abakebera omusaayi batono nnyo mu ggwanga." }, { "english": "He was suffering from ulcers.", "luganda": "Amabwa ge gaali gamuluma." }, { "english": "One of the best footballers died.", "luganda": "Omu ku bazannyi b'omupiira abasingayo obulungi yafa." }, { "english": "Many girls are sexually harassed.", "luganda": "Abawala bangi bakwatibwa lwa mpaka ne basobezebwako." }, { "english": "Some defilement cases are not reported.", "luganda": "Emisango egimu egyekuusa ku kusobezebwako gisirikirwa." }, { "english": "There are many causes of early marriages.", "luganda": "Abo abafumbizibwa oba abeefumbiza nga bakyali bato bangi." }, { "english": "Many roads are in poor condition.", "luganda": "Amakubo mangi gaali mu mbeera mbi nnyo." }, { "english": "Bad roads affect businesses.", "luganda": "Amakubo amabi gakosa eby'obusuubuzi." }, { "english": "There is a high theft rate of cars.", "luganda": "Obubbi bw'emmotokka bweyongedde nnyo." }, { "english": "Congo was affected by the war.", "luganda": "Congo yataataagulwa nnyo entalo." }, { "english": "People should take good care of their cars.", "luganda": "Abantu basaanidde okulabirira obulungi emmotoka zaabwe." }, { "english": "That pastor has many followers.", "luganda": "Omusumba oyo alina abagoberezi bangi." }, { "english": "It is not good to judge people.", "luganda": "Si kirungi okusalira abantu omusango." }, { "english": "He has a big church.", "luganda": "Alina ekkanisa nnene." }, { "english": "The water problem will be resolved.", "luganda": "Ekizibu ky'amazzi kijja kugonjoolwa." }, { "english": "There are few water sources in that region.", "luganda": "Ekitundu kirimu amazzi matono." }, { "english": "The project will be very expensive.", "luganda": "Pulojekiti ejja kutwala ssente nnyingi." }, { "english": "Many students received terror threats.", "luganda": "Abayizi bangi baatiisibwatiisibwa okuttibwa." }, { "english": "There is no evidence regarding these allegations.", "luganda": "Tewaliiwo bukakafu bukakasa bigambo ebyo." }, { "english": "The university deployed more security personnel.", "luganda": "Yunivasite yassaawo ab'eby'okwerinda bangi." }, { "english": "The journalist met with the university leaders.", "luganda": "Bannamawulire baasisinkana abakulembeze ba Yunivasite." }, { "english": "The leader was given a big assignment.", "luganda": "Omukulembeze yaweebwa omulimu omunene." }, { "english": "The lawyer said that they expect many theft cases during this season.", "luganda": "Munnamateeka waabwe yagamba nti basuubira emisango mingi egy'obubbi mu kiseera kino." }, { "english": "The law society hired a very qualified and experienced lawyer.", "luganda": "Ekibiina kya bannamateeka kyapangisa munnamateeka alina ebisaanyizo n'obumanyirivu." }, { "english": "He has enough experience in journalism.", "luganda": "Alina obumanyirivu obumala mu by'amawulire." }, { "english": "Many people are tortured when in prison.", "luganda": "Abantu bangi batulugunyizibwa nga bali mu kkomera." }, { "english": "The arrested mayor was later found innocent.", "luganda": "Meeya eyakwatibwa oluvannyuma baakizuula nga talina musango." }, { "english": "The stadium was neglected.", "luganda": "Baalekera awo okulabirira ekisaawe ky'omupiira." }, { "english": "The drainage system of the stadium was not good.", "luganda": "Emikuttu egitwala amazzi okuva mu kisaawe tegyali mirungi." }, { "english": "The stadium was renovated by a team of experienced engineers.", "luganda": "Ekisaawe ky'omupiira kyadaabirizibwa bayinginiya abakugu." }, { "english": "The city leaders secretly sold the market land.", "luganda": "Abakulembeze b'ekibuga baatunda ettaka ly'akatale mu nkukutu." }, { "english": "The ministry is constructing roads in most parts of the country.", "luganda": "Minisitule ekola enguudo mu bitundu ebisinga obungi eby'eggwanga." }, { "english": "The police officer called upon other institutions to intervene.", "luganda": "Omukulu wa poliisi yakoowola ebitangole ebirala okuyingira mu nsonga." }, { "english": "More police officers were deployed to tighten the security.", "luganda": "Baayongerako abapoliisi abalala okusobola okunyweza eby'okwerinda." }, { "english": "Some people did not like the president's statement.", "luganda": "Abantu abamu tebaayagala kwogera kwa pulezidenti." }, { "english": "People no longer have time to listen to the radio.", "luganda": "Abantu tebakyalina budde kuwuliriza laadiyo." }, { "english": "The president informed people about the bill.", "luganda": "Pulezidenti yategeeza abantu ebikwata ku bbago eryo." }, { "english": "Two women were killed.", "luganda": "Abakazi babiri baattibwa." }, { "english": "The woman was murdered by a group of businessmen.", "luganda": "Omukazi yattibwa akabinja k'abasajja abasuubuzi." }, { "english": "She was murdered mysteriously.", "luganda": "Omukazi yattemulwa mu ngeri ettategerekeka." }, { "english": "The criminals were not allowed out of prison.", "luganda": "Abazigu abo tebaakkirizibwa kuva mu kkomera." }, { "english": "Two people died from poisoned food.", "luganda": "Abantu babiri baafa olw'okulya emmere eyalimu obutwa." }, { "english": "The murdered boy was very young.", "luganda": "Omulenzi eyattemulwa yali muto nnyo." }, { "english": "Medical bills are very expensive.", "luganda": "Ebisale by'eddwaliro binene." }, { "english": "There is a doctors` conference every year.", "luganda": "Buli mwaka badokita baba n'olukungaana." }, { "english": "Many murder suspects were arrested.", "luganda": "Bangi abateeberezebwa okuba abattemu baakwatibwa." }, { "english": "The case is still being investigated.", "luganda": "Omusango ogwo gukyanoonyerezebwako." }, { "english": "Many people lost their land.", "luganda": "Abantu bangi baafiirwa ettaka lyabwe." }, { "english": "Surveyors did not give the owners of the land their documents", "luganda": "Abapunta tebaawa bannanyini ttaka biwandiiko byabwe." }, { "english": "The residents were not informed about the survey.", "luganda": "Abatuuze tebaategeezebwa bikwata ku kupunta ttaka." }, { "english": "The high court did not have any proof.", "luganda": "Kkooti eya waggulu teyalina bukakafu bwonna." }, { "english": "The judge said there was no evidence about the murder of the army man.", "luganda": "Omulamuzi yagamba nti tewaaliwo bukakafu bukwata ku kuttemulwa kw'omujaasi." }, { "english": "Courts were temporarily closed.", "luganda": "Kkooti zaaggalwawo okumala akaseera katono." }, { "english": "The prisons are very congested.", "luganda": "Amakomera gabooze." }, { "english": "The murdered women were very innocent.", "luganda": "Abakazi abaattemulwa tebaalina musonga gwonna." }, { "english": "The leader of that political party retired from politics.", "luganda": "Omukulembeze w'ekibiina ky'eby'obufuzi ekyo yawummula eby'obufuzi." }, { "english": "The businessman was sacrificing people for wealth.", "luganda": "Omusuubuzi yali asadaaka abantu afune obugagga." }, { "english": "The minister said that the murderers were mostly interested in women.", "luganda": "Minisita yagamba nti abattemu baali baagala kutta bakazi." }, { "english": "The transport system was affected.", "luganda": "Eby'entambula byakosebwa nnyo." }, { "english": "Drivers have an association that unites them.", "luganda": "Baduleeva balina ekibiina ekibagatta." }, { "english": "Drivers are not happy with the current management.", "luganda": "Baduleeva si basanyufu eri abakulembeze abaliko mu kiseera kino." }, { "english": "Many legislators do not attend parliamentary meetings.", "luganda": "Ababaka ba palamenti bangi tebabaawo mu ntuula za palamenti." }, { "english": "The weekly physical meetings have been put on hold because of the pandemic.", "luganda": "Entuula ezibaawo buli wiiki ziyimiriziddwa olw'ekirwadde." }, { "english": "Some members of parliament refuse to attend the meetings.", "luganda": "Ababaka ba palamenti abamu bagaana okubaawo mu ntuula zaabwe." }, { "english": "People are encouraged to use bank agents.", "luganda": "Abantu bakubirizibwa okukozesa b'ajenti ba bbanka." }, { "english": "Most mobile agents also serve as bank agents.", "luganda": "B'ajenti ba mobayilo bangi era bakola nga ba ajenti ba bbanka." }, { "english": "Nurses were on strike for two weeks.", "luganda": "Banansi babadde mu keeddiimo okumala wiiki bbiri." }, { "english": "The minister requested nurses to resume their work.", "luganda": "Minisita yasaba banansi okuddayo ku mirimu gyabwe." }, { "english": "Farmers need to create associations.", "luganda": "Abalimi balina okutondawo ebibiina." }, { "english": "Working as a team will help them to easily access financial services.", "luganda": "Okukolera awamu kijja kubayamba okufuna obuyambi bw'ensimbi." }, { "english": "Farming groups will be supported.", "luganda": "Ebibiina by'obulimi bijja kuyambibwako." }, { "english": "Some items from the supermarket were auctioned.", "luganda": "Ebintu ebimu mu ssemaduuka byatundibwa mu nkoya ya wanyondo." }, { "english": "Many businesses no longer have money to continue.", "luganda": "Bizineesi nnyingi tezikyalina ssente kweyongerayo." }, { "english": "Road construction requires a lot of money.", "luganda": "Kyetaagisa ssente nnyingi okusobola okuzimba ekkubo." }, { "english": "African countries need to work together.", "luganda": "Amawanga g'omu Afirika galina okukolera awamu." }, { "english": "The countries will benefit from each other if they unite.", "luganda": "Buli ggwanga lijja kuganyulwa ku linaalyo singa gakolera wamu." }, { "english": "Ministers always attend annual foreign lectures.", "luganda": "Buli mwaka baminisita batera okugenda mu nsi ez'ebweru okuyigirizibwa." }, { "english": "The sheikh was charged with terrorism.", "luganda": "Seeka baamuvvunaana gwa butujju." }, { "english": "The terrorists were assisted.", "luganda": "Abatujju baayambibwako." }, { "english": "The mines in Kasese were mismanaged.", "luganda": "Ebirombe by'e Kasese byakwatibwa bubi." }, { "english": "The investors did not have enough skills.", "luganda": "Bamusigansimbi tebaalina bukugu bumala." }, { "english": "There was a foot and mouth disease outbreak in western Uganda.", "luganda": "Ekirwadde kya kalusu kyabalukawo mu bugwanjuba bwa Uganda." }, { "english": "Beef and milk prices have been affected.", "luganda": "Emiwendo gy'ennyama n'amata gikoseddwa nnyo." }, { "english": "Many murder cases were reported in Entebbe and Wakiso.", "luganda": "Abantu bangi baatemulwa mu Wakiso n'Entebbe." }, { "english": "The murderers were working in groups.", "luganda": "Abattemu baakoleranga mu bibinja." }, { "english": "Parliamentary activities were halted.", "luganda": "Emirimu gya palamenti gyayimirizibwa." }, { "english": "Security ministers did not attend the meeting.", "luganda": "Baminisita b'eby'okwerinda tebaaliwo mu lukungaana." }, { "english": "Some murder suspects were imprisoned.", "luganda": "Abamu ku abo abaali bateeberezebwa okuba abattemu baasibibwa mu kkomera." }, { "english": "One suspect was found in a hut.", "luganda": "Omu ku abo abaali bateeberezebwa yasangibwa mu kasiisira." }, { "english": "Some families were sent away from their land.", "luganda": "Amaka agamu gaagobebwa mu ttaka lyabwe." }, { "english": "Police created different committees to investigate the murder cases.", "luganda": "Poliisi yassaawo obukiiko obutali bumu okusobola okunoonyereza ku misango gy'ettemu." }, { "english": "Police and the army are independent entities.", "luganda": "Poliisi n'amaggye bitongole bya njawulo." }, { "english": "People no longer trust the police.", "luganda": "Abantu tebakyesiga poliisi." }, { "english": "The security agencies are working hard to restore peace.", "luganda": "Ebitongole by'eby'okwerinda bikola nnyo okusobola okuzzaawo emirembe." }, { "english": "The police is using different tactics to fight the murderers.", "luganda": "Poliisi ekozesa obukoddyo obutali bumu okusobola okulwanyisa abattemu." }, { "english": "There are many gaps in the security of this country.", "luganda": "Waliwo emiwaatwa mingi mu by'okwerinda by'eggwanga." }, { "english": "The police must protect people`s lives.", "luganda": "Buvunaanyizibwa bwa poliisi okukuuma obulamu bw'abantu." }, { "english": "Many youths joined the army.", "luganda": "Abavubuka bangi baayingira amaggye." }, { "english": "Some legislators presented their concerns to parliament regarding the increased murder cases.", "luganda": "Ababaka ba palamenti abamu bayanjula ensonga yaabwe eri palamenti ku bikwata ku kweyongerayongera kw'ettemu." }, { "english": "The President called upon all security organizations to work together.", "luganda": "Pulezidente yakoowola ebitongole by'okwerinda byonna okukolera awamu." }, { "english": "Some women were raped before being killed.", "luganda": "Abakazi bamala kusobezebwako ne balyoka battibwa." }, { "english": "Many people don't feel safe.", "luganda": "Abantu bangi bawulira nga tebalina bukuumi." }, { "english": "Some police officers are corrupt.", "luganda": "Abapoliisi abamu balya enguzi." }, { "english": "The police needs to apply other strategies.", "luganda": "Poliisi erina okukozesa enkola endala." }, { "english": "Many people enjoy watching football.", "luganda": "Abantu bangi banyumirwa okulaba omupiira." }, { "english": "He is one of the best footballers in the country.", "luganda": "Y'omu ku abo abasinga okuzannya omupiira mu ggwanga." }, { "english": "An international footballer gave charity to poor families.", "luganda": "Omuzannyi omu azannya ogw'ensi yonna yawa obuyambi eri amaka amaavu." }, { "english": "Many workers are exploited by their employers.", "luganda": "Abakozi bangi bakama baabwe babasasula omusaala mutono ate nga bakozesebwa nnyo." }, { "english": "Some exploited workers are not helped when they seek legal help.", "luganda": "Abamu ku abo abakozesebwa ennyo ate nga baweebwa omusaala mutono tebayambibwa ensonga zaabwe bwe bazitwala mu mateeka." }, { "english": "The national team is now participating in international football championships.", "luganda": "Ttiimu y'eggwanga ey'omupiira kati ezannya gwa balunywera ogw'ensi yonna." }, { "english": "Many schools are not given enough financial support.", "luganda": "Amasomero mangi tegaweebwa buyambi bumala mu by'ensimbi." }, { "english": "The structures of various schools are not in good condition.", "luganda": "Ebizimbe by'amasomero mangi tebiri mu mbeera nnungi." }, { "english": "Many schools in rural areas do not perform well.", "luganda": "Amasomero mangi agali mu byalo tegakola bulungi." }, { "english": "Many people quit their jobs because they are not paid well.", "luganda": "Abantu bangi baleka emirimu gyabwe olw'obutasasulwa bulungi." }, { "english": "People need to develop a habit of saving.", "luganda": "Abantu balina okuyiga okubaako kye baterekawo." }, { "english": "Workers need to change their way of working.", "luganda": "Abakozi balina okukyusa engeri gye bakolamu." }, { "english": "There is a high rate of deforestation.", "luganda": "Ebibira bisaanyizibwawo." }, { "english": "People are being advised to plant more trees.", "luganda": "Abantu bakubirizibwa okusimba emiti emirala." }, { "english": "Prolonged droughts have affected farming.", "luganda": "Ekyeya kikosezza nnyo eby'obulimi." }, { "english": "There is a food shortage in the northern region.", "luganda": "Mu Mambuka eriyo enjala." }, { "english": "Many youths are dealing in drugs.", "luganda": "Abavubuka bangi bakukusa biragalaragala." }, { "english": "Some drug addicts have been imprisoned from other countries.", "luganda": "Abantu abamu abeekamirira ebiragalaragala basibiddwa mu nsi endala." }, { "english": "Some countries sentence people that abuse drugs to death.", "luganda": "Amawanga agamu gasiba abo abeekamirira ebiragalaragala." }, { "english": "Many Muslims go to Mecca every year.", "luganda": "Abasiraamu bangi bagenda e Meeka buli mwaka." }, { "english": "Mecca is considered a holy city.", "luganda": "Meeka etwalibwa ng'ekibuga ekitukuvu." }, { "english": "They surveyed the land illegally.", "luganda": "Ettaka balipuntira mu bumenyi bw'amateeka." }, { "english": "The survey exercise should be stopped.", "luganda": "Okupunta ettaka kulina okukomezebwa." }, { "english": "Many people do not agree with the land bill.", "luganda": "Abantu bangi tebakkiriziganya na bbago ly'ettaka." }, { "english": "The marriage bill needs to be revised.", "luganda": "Etteeka erikwata ku bufumbo lirina okuddamu okwekenneenyezebwa." }, { "english": "The bill is not fair.", "luganda": "Etteeka eryo si ddungi." }, { "english": "The President encourages people to participate in co-curricular activities.", "luganda": "Pulezidenti akubiriza abantu okwenyigira mu mirimu emirala." }, { "english": "Many children participate in the scout`s week.", "luganda": "Abaana bangi beenyigira mu lusiisira lw'abasikawutu" }, { "english": "Affected people were advised to relocate to other areas.", "luganda": "Abantu abaakosebwa baaweebwa amagezi okuva mu kitundu ekyo badde mu kirala." }, { "english": "People in that area should be prepared for any disaster.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu ekyo basaanidde okwerinda akatyabaga akalala konna." }, { "english": "The national team footballers should do enough practice.", "luganda": "Abazannyira omupiira mu ttiimu y'eggwanga balina okwegezaamu ekimala." }, { "english": "The team traveled to Egypt.", "luganda": "Ttiimu yagenda Misiri." }, { "english": "Some people were chased away from their land.", "luganda": "Abantu abamu baagobebwa ku ttaka lyabwe." }, { "english": "There were land wrangles in Hoima.", "luganda": "Waaliwo enkaayana z'ettaka e Hoima." }, { "english": "He is supervising the project in Hoima.", "luganda": "Alabirira pulojekiti e Hoima." }, { "english": "Many people are starving.", "luganda": "Abantu bangi balumwa enjala." }, { "english": "The previous harvesting season was not good.", "luganda": "Amakungula ag'omulundi oguwedde tegaali malungi." }, { "english": "There was a severe famine.", "luganda": "Waaliwo enjala ya maanyi nnyo." }, { "english": "The election results were canceled.", "luganda": "Ebyava mu kulonda byasazibwamu." }, { "english": "The chairman said that the decision was not good.", "luganda": "Ssentebe yagamba nti okusalawo okwo tekwali kulungi." }, { "english": "There were many demonstrations during the elections.", "luganda": "Waaliwo okwekalakaasa kungi mu kiseera ky'okulonda." }, { "english": "He won the elections.", "luganda": "Ye yawangula okulonda." }, { "english": "The last elections were rigged.", "luganda": "Okulonda okuwedde mwalimu okubba." }, { "english": "Only six suspects were detained.", "luganda": "Abantu mukaaga bokka kw'abo abaali bateeberezebwa be baasibibwa." }, { "english": "Solar lights were installed on the streets.", "luganda": "Amakubo gaassibwako amataala agakolera ku maanyi g'enjuba." }, { "english": "Installing street lights in the whole city will be an expensive project.", "luganda": "Kijja kutwala ssente nnyingi nnyo okussa amataala mu nguudo zonna az'omu kibuga." }, { "english": "The believers accused their church leader.", "luganda": "Abakkiriza baavvunaana abakulembeze b'ekkanisa yaabwe." }, { "english": "He is involved in politics.", "luganda": "Yeenyigidde mu bya bufuzi." }, { "english": "News reporters released wrong information.", "luganda": "Abasasi b'amawulire baafulumya amawulire amakyamu." }, { "english": "He blamed the article editors.", "luganda": "Yanenya abakungaanya b'eggulire eryo." }, { "english": "Legislators collected different signatures.", "luganda": "Ababaka ba palamenti baakungaanya emikono egitali gimu." }, { "english": "Many people died during the eviction.", "luganda": "Abantu bangi baafa bwe baali bagobebwa okuva mu ttaka lyabwe." }, { "english": "The minister was accused of inciting violence.", "luganda": "Minisita yavuaanibwa olw'okukuma omuliro mu bikolwa eby'obukambwe." }, { "english": "The market vendors need new leaders.", "luganda": "Abasuubuzi mu butale beetaaga abakulembeze abapya." }, { "english": "Many officials were interested in the oil and gas money.", "luganda": "Abakungu bangi baali baagala nnyo ssente ezinaava mu mafuta ne mu gaasi." }, { "english": "Most ministers possess big farms.", "luganda": "Ba minisita bangi balina faamu ennene." }, { "english": "The government is expecting to earn a lot of money from oil and gas.", "luganda": "Gavumenti esuubira okufuna ssente nnyingi okuva mu mafuta ne gaasi." }, { "english": "Over-staying in leadership is not good.", "luganda": "Si kirugi omuntu okulwa ennyo mu bukulembeze." }, { "english": "He was a great leader.", "luganda": "Yali mukulembe mulungi nnyo." }, { "english": "The journalist who was present has a report about the event.", "luganda": "Munnamawulire eyaliwo alina alipoota ekwata ku ebyo ebyaliwo." }, { "english": "The national team qualified for the tournament.", "luganda": "Ttiimu y'eggwanga yayitamu okugenda mu lwokaano." }, { "english": "The national team lost the competition.", "luganda": "Ttiimu y'eggwanga yawangulwa." }, { "english": "Uganda Cranes is hoping for a transformation.", "luganda": "Uganda cranes esuubira kukola nkyukakyuka." }, { "english": "The team is doing all the necessary training.", "luganda": "Ttiimu yeenyigidde mu kutendekebwa okwa buli kikka." }, { "english": "There are national schools` football competitions every year.", "luganda": "Buli mwaka wabaawo okuvuganya mu mupiira gw'amasomero." }, { "english": "The authority is looking for the best ways to cut costs.", "luganda": "Ab'obuyinza banoonya engeri esingayo obulungi ey'okukendeeza ku bisale." }, { "english": "A lot of money is spent on road construction.", "luganda": "Ssente nnyingi nnyo zigenda mu kuzimba enguudo." }, { "english": "The authority is using domestic engineers.", "luganda": "Ab'obuyinza bakozesa ba yinginiya aba wano." }, { "english": "Civil servants may strike due to low salaries.", "luganda": "Abakozi bayinza okwekalakaasa olw'emisaala emitono." }, { "english": "Many people earn less compared to the work they do.", "luganda": "Abantu bangi basasulwa ssente ntono nnyo bw'ogeraageranya n'emirimu gye bakola." }, { "english": "Civil servants have a union that puts them together.", "luganda": "Abakozi balina ekibiina ekibagatta." }, { "english": "The union`s request was not considered.", "luganda": "Ekibiina bye kyasaba tebyakolebwako." }, { "english": "The businessman lost the land case.", "luganda": "Omusuubuzi yasingibwa omusango gw'ettaka." }, { "english": "The land belonged to a certain group of traders.", "luganda": "Ettaka lyali lya kabiina akamu ak'abasuubuzi." }, { "english": "The eviction was not successful.", "luganda": "Okugoba abantu ku ttaka eryo kwagwa buttaka." }, { "english": "That football team was highly respected.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira yali essibwamu nnyo ekitiibwa." }, { "english": "Many scouts participated in the annual youth camp.", "luganda": "Abasikawutu bangi beenyigira mu lusiisira lw'abavubuka olubaawo buli mwaka." }, { "english": "Children from different parts of the country participated.", "luganda": "Abaana okuva mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu baalwenyigiramu." }, { "english": "Children are taught various skills.", "luganda": "Abaana baabangulwa mu bintu bingi." }, { "english": "He returned to the national team.", "luganda": "Yaddayo mu ttiimu y'eggwanga." }, { "english": "Football competitions encourage hard work.", "luganda": "Okuvuganya mu mupiira kukubiriza abantu okukola ennyo." }, { "english": "The national team played against one of the strong teams in Africa.", "luganda": "Ttiimu y'eggwanga yazannya n'emu ku ttiimu ez'amaanyi mu Africa." }, { "english": "People cut down trees to get timber for sale.", "luganda": "Abantu batema emiti basole okufuna embaawo ez'okutunda." }, { "english": "Many people were killed during the rebel attacks.", "luganda": "Abantu bangi baatibwa mu bulumbaganyi bw'abayeekera." }, { "english": "It is important to study about the environment.", "luganda": "Kikulu nnyo okusoma ebikwata ku butonde bw'ensi." }, { "english": "A report on the presidential elections was released.", "luganda": "Alipoota ekwata ku kulonda kwa pulezidenti yafulumizibwa." }, { "english": "Free and fair elections promote the political stability of a country.", "luganda": "Okulonda okw'amazima n'obwenkanya kutumbula obutebenkevu mu by'obufuzi bw'eggwanga." }, { "english": "She has more details on the story.", "luganda": "Bingi by'amanyi ku nsonga ezo." }, { "english": "We have witnessed a high level of vote-rigging in this presidential election.", "luganda": "Tulabye okubba obululu okw'ekika ekya waggulu mu kulonda kuno okwa bapulezidenti." }, { "english": "He is the founder of that political party.", "luganda": "Ye yatandikawo ekibiina ky'eby'obufuzi ekyo." }, { "english": "We have given the president a full report on the security adjustments.", "luganda": "Pulezidenti tumuwadde alipoota ennambulukufu ekwata ku nkyukakyuka ezirina okukolebwa mu by'okwerinda." }, { "english": "Many people lost their lives during the tribal war.", "luganda": "Abantu bangi baafiirwa obulamu bwabwe mu kiseera ky'olutalo lw'amawanga." }, { "english": "Women have taken up high positions in government.", "luganda": "Abakazi bafunye ebifo ebya waggulu mu gavumenti." }, { "english": "Military police beat journalists during campaigns.", "luganda": "Poliisi y'amaggye ekuba bannamawulire mu kiseera ky'okukuba kampeyini." }, { "english": "Shops at the border points were closed on election day.", "luganda": "Amaduuka agali ku nsalo gaaggalwawo ku lunaku lw'okukuba obululu." }, { "english": "Our office will be open after the presidential election.", "luganda": "Ofiisi zaffe zijja kuba nziggule oluvannyuma lw'okulonda pulezidenti." }, { "english": "Police was deployed at all border points.", "luganda": "Poliisi zaateekebwa ku nsalo zonna." }, { "english": "The opposition leader claimed to have evidence of election malpractice.", "luganda": "Omukulembe w'oludda oluvuganya yagamba nti alina obukakafu obulaga nti okulonda kwalimu okubba." }, { "english": "Someone has tampered with my computer.", "luganda": "Waliwo attizettize kompyuta yange." }, { "english": "The results proved that she was raped.", "luganda": "Ebyava mu kukebera bikakasa nti yasobezebwako." }, { "english": "This evidence will push our investigations forward.", "luganda": "Obukakafu buno bujja kutuyamba okweyongerayo mu maaso n'okunoonyereza kwaffe." }, { "english": "He told the whole community the news.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu bonna yabagamba amawulire ago." }, { "english": "There was a massive turn-up at the election polls.", "luganda": "Okukuba akalulu kwajjumbirwa nnyo." }, { "english": "Some people did not vote.", "luganda": "Abantu abamu tebaalonda." }, { "english": "The government has built a modern market in our town.", "luganda": "Gavumenti ezimbye akatale ak'omulembe mu tawuni yaffe." }, { "english": "Some street vendors can’t afford to pay for the market stalls.", "luganda": "Abasuubuzi abamu abakolera ku nguudo tebasobola kusasulira midaala mu katale." }, { "english": "She updated us about the current situation.", "luganda": "Yatubuulira ebikwata ku mbeera nga bw'eri kati." }, { "english": "There is a measles outbreak in our village.", "luganda": "Mu kyalo kyaffe wabaluseeyo ekirwadde kya lukusense." }, { "english": "Sick people should always be taken to health facilities.", "luganda": "Abantu abalwadde balina okutwalibwanga mu ddwaliro." }, { "english": "He told them the story.", "luganda": "Yabagamba ebyaliwo." }, { "english": "He has moved out of this year's parliamentary race in favor of his opponent.", "luganda": "Avudde mu lwokaano lw'ababaka ba palamenti olw'omwaka guno n'alekera oyo abadde amuvuganya." }, { "english": "They were brought before a court of law.", "luganda": "Baatwalibwa mu kkooti y'amateeka." }, { "english": "The internet was shut down during election time.", "luganda": "Yintaneeti yaggalwawo mu kiseera ky'okulonda." }, { "english": "We are not allowed to move at night.", "luganda": "Tetukkirizibwa kutambula kiro." }, { "english": "The people in the rural areas participated highly in this year's presidential election.", "luganda": "Abantu b'omu byalo beenyigira nnyo mu kulonda bapulezidenti okw'omwaka guno." }, { "english": "The streets of Kampala were empty by midday.", "luganda": "We bwatuukira essaawa mukaaga ez'emisana enguudo z'omu Kampala tezaalimu bantu." }, { "english": "Uganda Airlines started operating last year.", "luganda": "Ennyonnyi ya Uganda yatandika okukola omwaka oguwedde." }, { "english": "I will book my flight ticket to Nairobi tomorrow.", "luganda": "Ttikiti yange ey'okugenda e Nairobi nja kugisala enkya." }, { "english": "Domestic flights will be available.", "luganda": "Ennyonnyi ezibuukira wano mu ggwanga zo zijja kubaawo." }, { "english": "The government has failed to recruit teachers.", "luganda": "Gavumenti eremereddwa okuwandiika abasomesa." }, { "english": "The government has promised to put in more funds in the education sector.", "luganda": "Gavumenti esuubizza okuteeka ssente endala mu kitongole ky'eby'enjigiriza." }, { "english": "Opposition leaders claim that some foreigners voted.", "luganda": "Ab'oku ludda oluvuganya bagamba nti abagwiira abamu baalonda." }, { "english": "He gave us all the details of what took place.", "luganda": "Yatubuulira byonna ebyaliwo." }, { "english": "The news will be shown on television later today.", "luganda": "Amawulire gajja kuba ku ttivi oluvannyumako leero." }, { "english": "The ruling party won the elections for the third time.", "luganda": "Ekibiina ekiri mu buyinza kyawangula okulonda omulundi ogw'okusatu" }, { "english": "There were two more aspirants in the presidential race.", "luganda": "Waliwo abantu abalala babiri abaali beesimbyewo okuvuganya ku kifo kya pulezidenti." }, { "english": "How did he manage to win people's hearts?", "luganda": "Yasobola atya okutuuka ku mitima gy'abantu?" }, { "english": "Aspiring candidates have been given enough time to campaign.", "luganda": "Abo abeesimbyewo baweereddwa obudde obumala okukuba kampeyini." }, { "english": "A senior officer of the army has passed on.", "luganda": "Waliwo omukulu mu maggye afudde." }, { "english": "He is the spokesman of that ministry.", "luganda": "Ye mwogezi w'amaggye ago." }, { "english": "She died of breast cancer.", "luganda": "Yafudde kookolo w'amabeere." }, { "english": "He was stationed in the neighboring country.", "luganda": "Abadde mu nsi ey'oku muliraano." }, { "english": "He is the minister's bodyguard.", "luganda": "Ye mukuumi wa minisita." }, { "english": "Why do those people love their president so much?", "luganda": "Lwaki abantu abo baagala nnyo pulezidenti waabwe?" }, { "english": "He has a working experience of twenty years.", "luganda": "Obumanyirivu bw'alina ku mulimu ogwo bwa myaka amakumi abiri." }, { "english": "She is the woman member of parliament elected for that district.", "luganda": "Ye mubaka wa palamenti omukyala mu disitulikiti eyo." }, { "english": "Sugarcane is largely grown in the eastern part of Uganda.", "luganda": "Okusingira ddala ebikajjo birimibwa mu Buvanjuba bwa Uganda." }, { "english": "The sugarcane business was not profitable last season.", "luganda": "Bizineesi y'ebikajjo teyali nnungi omwaka oguwedde." }, { "english": "They will begin commercial sugar cane growing next year.", "luganda": "Omwaka ogujja bajja kutandika okulima ebikajjo eby'okutunda." }, { "english": "He updated his friends about the current situation.", "luganda": "Banne yabagamba ebikwata ku mbeera nga bw'eri kati." }, { "english": "He gave the participants money in support of the sport.", "luganda": "Olw'okuwagira omuzannyo abazannyi yabawa ssente." }, { "english": "The money was given to the volleyball players in cash.", "luganda": "Ssente zaaweebwa abazannyi b'omuzannyo gw'ensero." }, { "english": "People with similar origins work well together.", "luganda": "Abantu abasibuka mu bitundu bye bimu kibanguyira okukolera awamu." }, { "english": "They are greedy for power.", "luganda": "Balulunkanira buyinza." }, { "english": "She explored the details of businesses in Kenya.", "luganda": "Omukyala oyo yanoonyereza ku bizineesi ezikolebwa mu Kenya." }, { "english": "The government will ensure peaceful elections this year.", "luganda": "Gavumenti ejja kukakasa nti wabaawo okulonda okw'emirembe omwaka guno." }, { "english": "We were advised to return home after voting.", "luganda": "Twakubirizibwa okuddayo ekka nga tumaze okukuba akalulu." }, { "english": "People are worried about the outcome of this year's election.", "luganda": "Abantu beeraliikirivu ku binaava mu kulonda kw'omwaka guno." }, { "english": "Peace will be maintained throughout the election.", "luganda": "Wajja kubaawo emirembe mu kulonda kwonna" }, { "english": "How many years did he spend in prison?", "luganda": "Mu kkomera yamalayo emyaka emmeka?" }, { "english": "The manager of that bank was imprisoned for stealing money from customers' accounts.", "luganda": "Manejja wa bbanka eyo yasibibwa mu kkomera olw'okubba ssente za bakasitoma okuva ku akawunta zaabwe." }, { "english": "He was involved in multiple crimes.", "luganda": "Yazza emisango mingi." }, { "english": "He reads the news every day.", "luganda": "Asoma amawulire buli lunaku." }, { "english": "He has aspired to that post several times.", "luganda": "Emirundi mingi abadde akiraga nti ayagala nnyo ekifo ekyo." }, { "english": "No one can challenge him in this game.", "luganda": "Tewali ayinza kumuwangula mu muzannyo guno." }, { "english": "This island borders Kenya and Uganda.", "luganda": "Ekizinga kino kiri ku nsalo ya Uganda ne Kenya." }, { "english": "The kickboxing team will be competing in another country.", "luganda": "Abazannyi b'ensambagere bajja kuzannyira mu nsi endala." }, { "english": "They did serious training for this competition.", "luganda": "Beetendese nnyo okusobola okwenyigira mu kuvuganya kuno." }, { "english": "The leader was punished for negligence of the law.", "luganda": "Omukulembeze yabonerezebwa lwa kubuusa maaso amateeka." }, { "english": "Investigations about the fake land titles are going on.", "luganda": "Okunoonyereza ku byappa ebijingirire kugenda mu maaso." }, { "english": "She never responded to the lawsuit.", "luganda": "Omukyala oyo talina kye yaddamu bwe baamutwala mu kkooti." }, { "english": "That is all he had to say.", "luganda": "Ebyo byokka bye yalina okwogera." }, { "english": "There is an increase in teenage pregnancies these days.", "luganda": "Ennaku zino omuwendo gw'abawala abatiini abafuna emboto gweyongedde obungi." }, { "english": "Many young girls drop out of school due to unplanned pregnancies", "luganda": "Abawala bangi balekera awo okusoma olw'okufuna embuto zebateetegekedde." }, { "english": "The rate of family breakups is high these days.", "luganda": "Amaka agasattululwa geeyongedde nnyo ensangi zino." }, { "english": "Some children are mentally tortured because of their parents' divorce.", "luganda": "Abaana abamu bayisibwa bubi nnyo bazadde baabwe bwe baggattululwa mu bufumbo." }, { "english": "We need more information.", "luganda": "Twagala okumanya ebisingawo." }, { "english": "We have prayers at home every evening.", "luganda": "Buli kawungeezi tuba n'okusaba eka." }, { "english": "Most of my relatives live in America.", "luganda": "Ab'enganda zange abasinga obungi babeera mu America." }, { "english": "They prayed in their mother tongues.", "luganda": "Baasabira mu lulimi lwabwe." }, { "english": "They attended a church service in Boston.", "luganda": "Basabira mu kkanisa e Boston." }, { "english": "We were able to see everything around this place.", "luganda": "Twasobola okulaba buli kimu mu kitundu kino." }, { "english": "Lawyers provide legal advice and guidance.", "luganda": "Bannamateeka bawa obulagirizi n'amagezi ku nsonga ezikwata ku mateeka." }, { "english": "Some people are not happy with the president's decision.", "luganda": "Abantu abamu tebasanyukidde kusalawo kwa pulezidenti." }, { "english": "I didn't pick a point from his speech.", "luganda": "Ssaategeera kintu kyonna mu ebyo bye yayogera." }, { "english": "Our population is smaller compared to other districts.", "luganda": "Abantu abali mu disitulikiti yaffe batono nnyo bw'ogeraageranya n'ab'omu disitulikiti endala." }, { "english": "The electoral commission is ready for the general elections next week.", "luganda": "Akakiiko akakola ku by'okulonda keetegekedde okulonda kwa bonna okugenda okubaawo wiiki ejja." }, { "english": "We should always keep peace in our communities.", "luganda": "Bulijjo tulina okukuuma emirembe mu bitundu gye tubeera." }, { "english": "The law enforcement officers arrested street vendors today in the morning.", "luganda": "Abo abakwasissa amateeka bakutte abatundira ebintu ku nguudo leero ku makya." }, { "english": "Four law enforcement officers were suspended for violating the rights of street vendors.", "luganda": "Abakwasissa amateeka bana bayimiriziddwa ku mirimu olw'okutyoboola eddembe ly'abo abatundira ebintu ku nguudo." }, { "english": "She was knocked by a speeding car while running from police officers.", "luganda": "Yatomerwa emmotoka eyali ku misinde egy'amaanyi bwe yali adduka abapoliisi." }, { "english": "We will follow the story.", "luganda": "Tujja kugoberera ebigenda mu maaso." }, { "english": "The lead judge concluded hearings and also set dates for the next proceedings.", "luganda": "Omulamuzi eyakulemberamu banne yafundikira okuwuliriza ensonga era n'assaawo olunaku olw'okuwolezaako." }, { "english": "Usually pilgrims get stranded after martyrs day celebrations.", "luganda": "Abalamazi batera okubaawo nga balinga abatamanyi kiddako oluvannyuma lw'okukuza olunaku lw'abajulizi." }, { "english": "Relatives usually search for their missing persons from the police stations.", "luganda": "Abamu batera okugenda ku poliisi nga banoonya abantu baabwe ababa bababuzeeko." }, { "english": "The government will be able to extend the power supply to the rural areas of the country.", "luganda": "Gavumenti ejja kusobola okutuusa amasanyaleze mu bitundu eby'omu byalo mu ggwanga lino." }, { "english": "The government of Uganda can be sued in courts of law by people.", "luganda": "Abantu basobola okukuba gavumenti ya Uganda mu mbuga z'amateeka." }, { "english": "Hospitals in Kampala have skilled and available doctors all time.", "luganda": "Amalwaliro g'omu Kampala gabaamu abasawo abakugu ekiseera kyonna." }, { "english": "There are both private and government-owned hospitals in the country.", "luganda": "Mu ggwanga mulimu amalwaliro ga gavumenti n'ag'obwannanyini." }, { "english": "Overspeeding is one of the causes of road accidents.", "luganda": "Okuvuga endiima kye kimu ku ebyo ebiviirako obubunje ku makubo." }, { "english": "News anchors investigate and report current situations in the country.", "luganda": "Abasomi b'amawulire banoonyereza era ne bafulumya amawulire agakwata ku mbeera eriwo mu ggwanga.." }, { "english": "The government should put policy measures to guide the land tenure system.", "luganda": "Govumenti esaanidde esseewo enkola ennewa obulagirizi ku bwannanyini bw'ettaka." }, { "english": "Land disputes and grabbing are experienced more in the central part of the country.", "luganda": "Enkaayana n'obubbi bw'ettaka bisinga kuba mu massekati g'eggwanga." }, { "english": "Television stations employ news anchors to report and cover current situations.", "luganda": "Ttivi zikozesa bannamawulire okugasaka n'okugafulumya nga gakwata ku mbeera eba eriwo." }, { "english": "The police has to investigate and give a report about the recent kidnaps and killing of women.", "luganda": "Poliisi erina okunoonyereza n'okuwa alipoota ekwata ku kiwamba ne ku kitta bakyala ekibadde kyakabaawo." }, { "english": "The legislature has to address the issues that are affecting people most.", "luganda": "Palamenti erina okukola ku nsonga ezisinga okuluma abantu." }, { "english": "The legislators are to elect the Speaker and Deputy Speaker of parliament next week.", "luganda": "Ababaka ba palamenti bajja kulonda omwogezi wa palamenti n'omummyuka we wiiki ejja." }, { "english": "Political parties learn from their mistakes during an election.", "luganda": "Ebibiina by'obufuzi biyigira ku nsobi ze byakola mu kiseera ky'okulonda." }, { "english": "The police investigations and reports take long causing a delay in justice.", "luganda": "Poliisi erwawo okukola okunoonyereza era n'okuwa alipoota era kino kirwisaawo obwenkanya." }, { "english": "The Assistant Inspector-General of Police gave his opinion about the situation at hand.", "luganda": "Omummyuka wa ssabaduumizi wa poliisi yawa endowooza ye ku mbeera eyaliwo." }, { "english": "The current situation and state of the police were broadcasted on national television.", "luganda": "Embeera eyaliwo n'embeera poliisi gy'erimu byayogerwako ku ttivi y'eggwanga." }, { "english": "The guest of honor arrived late for the celebrations.", "luganda": "Omugenyi omukulu yatuuka kikeerezi ku mukolo." }, { "english": "Millions of people were addressed during the gathering.", "luganda": "Baayogera eri obukadde n'obukadde bw'abantu mu kiseera ky'olukungaana." }, { "english": "Every year pilgrims make a trek to celebrate the martyrs.", "luganda": "Buli mwaka abalamazi battindigga engendo okujjukira abajulizi." }, { "english": "Thousands of Christians gather to remember and celebrate the life of the martyrs.", "luganda": "Enkumi n'enkumi z'Abakristaayo bakungaana okujjukira n'okujjaguza obulamu bw'abajulizi." }, { "english": "Take a look at this new car I have bought.", "luganda": "Laba emmotoka eno empya gye nguze." }, { "english": "Most Christians look forward to the annual celebrations of Martyr's day.", "luganda": "Abakristaayo bangi buli mwaka baba beesunga olunaku lw'okujjukirirako abajulizi." }, { "english": "People from different parts of the country come together on this day.", "luganda": "Abantu okuva mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu bakungaana wamu ku lunaku luno." }, { "english": "The government should financially contribute to all church projects.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okuwagira mu by'ensimbe pulojekiti z'ekkanisa zonna." }, { "english": "Banks ask for collateral before offering a loan.", "luganda": "Bbanka zisaba omusingo nga tezinnawola ssente." }, { "english": "The government should protect the church property from being taken by banks.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okukuuma ebintu by'ekkanisa bireme kutwalibwa bbanka." }, { "english": "Political parties discipline their members who go astray from the parties' rules and guidelines.", "luganda": "Ebibiina by'eby'obufuzi bibonereza bamemba baabyo ababa bawabye okuva ku mateeka n'obulagirizi by'ekibiina." }, { "english": "Voters maintained and kept the peace during both the voting and ballot tallying activities.", "luganda": "Abantu baakuuma emirembe mu kiseera ky'okulonda ne mu kiseera ky'okubala obululu." }, { "english": "Voter bribery and electoral malpractice dominated the recently concluded elections.", "luganda": "Ebikolwa by'okugulirira abalonzi n'okubba obululu byali bingi nnyo mu kulonda okwakagwa." }, { "english": "The government is obliged to compensate people who are affected by its projects.", "luganda": "Gavumenti eba erina okusasulira abo ababa bakoseddwa pulojekiti zaayo." }, { "english": "Women have a right to participate in the politics of the country.", "luganda": "Abakazi balina eddembe okwenyigira mu by'obufuzi bw'eggwanga." }, { "english": "The authorities depend on the money allocated to them in the budget.", "luganda": "Ab'obuyinza beesigama ku ssente eziba zibaweereddwa mu mbalirira y'eggwanga." }, { "english": "Compensation disputes can be settled outside the courtroom.", "luganda": "Enkaayana ezikwata ku kuliyirirwa ziyinza okumalibwawo wabweru wa kkooti." }, { "english": "Some people get to be compensated before evacuation.", "luganda": "Abantu abamu baliyirirwa nga tebannagyibwawo." }, { "english": "Few people were planned for during budget planning.", "luganda": "Bantu batono abaalowoozebwako mu kuteekateeka embalirira y'eggwanga." }, { "english": "Most businesses face debts.", "luganda": "Bizineesi nnyingi zirina amabanja." }, { "english": "Most businesses today collapse because they employ family members friends and relatives.", "luganda": "Bizineesi nnyingi leero zigwa olw'okukozesa ab'enganda n'ab'emikwano." }, { "english": "Campaigns and elections should not be religion-based because it causes separation amongst people.", "luganda": "Kampeyini n'okulonda tebisaanidde kwesigamizibwa ku ddiini kubanga kireetawo enjawukana mu bantu." }, { "english": "The church should not involve itself in politics.", "luganda": "Ekkanisa terina kwenyigira mu bya bufuzi." }, { "english": "Every eligible citizen has a right to vote for any person of their choice.", "luganda": "Buli muntu atuukiriza ebisanyizo wa ddembe okulonda omuntu yenna gw'ayagala." }, { "english": "Campaigns can be carried out harmoniously by political parties without accusations.", "luganda": "Ekibiina ky'eby'obufuzi kisobola okukuba kampeyini awatali kunenyezebwa." }, { "english": "Fire outbreaks have to be insured by business owners.", "luganda": "Bannanyini bizineesi basaanidde okuteeka bizineesi zaabwe mu yinsuwa eyamba singa omuliro gusanyaawo ebintu." }, { "english": "The police should investigate and make a report about the rapid-fire outbreaks.", "luganda": "Poliisi esaanidde okunoonyereza n'okukola alipoota ekwata ku muliro ogukyase ensangi zino." }, { "english": "There has been an increase in the number of fire outbreaks in the country.", "luganda": "Omuliro gukyase nnyo ensangi zino mu ggwanga." }, { "english": "The fire and rescue team should procure more firefighting equipment.", "luganda": "Abo abakola omulimu gw'okuzikiza omuliro basaaanidde okuba n'ebikozesebwa okuzikiza omuliro ebimala." }, { "english": "There was an eyewitness when it all happened.", "luganda": "Waliwo eyaliwo ng'alaba byonna ebyali bigenda mu maaso." }, { "english": "Delays in investigations and evidence collection make court hearings take long.", "luganda": "Okulwawo okukola okunoonyereza n'okukunganya obujulizi bireetera kkooti okulwawo okuwuliriza omusango." }, { "english": "Many criminals can’t afford to hire lawyers because they are expensive.", "luganda": "Abamenyi b'amateeka bangi tebasobola kugula bannamateeka kubanga kyetaagisa ssente nnyingi." }, { "english": "The construction of more power dams will increase the amount of electricity produced.", "luganda": "Okuzimba amabibiro g'amasanyalaze amalala kijja kwongera ku bungi bw'amasanyalaze." }, { "english": "Policy measures should be implemented to solve land disputes.", "luganda": "Wasaanidde okubaawo enkola ennambulukufu egobererwa okusobola okugonjoola enkaayana z'ettaka." }, { "english": "Land disputes have caused delays to the projects.", "luganda": "Enkaayana z'ettaka zirwisizzaawo pulojekiti." }, { "english": "A business is a separate legal entity from its owners.", "luganda": "Bizineesi ebeera ya njawulo nnyo ku nnyiniyo." }, { "english": "Business transactions should be carried out transparently and honestly.", "luganda": "Bizineesi erina okukolebwa mu bwerufu ne mu bwesigwa." }, { "english": "Audit reports are very important in managing and running a business.", "luganda": "Okusobola okuddukanya bizineesi obulungi kikulu nnyo okwekennenya ebiwandiiko bya bizineesi." }, { "english": "Businesses experience losses.", "luganda": "Bizineesi zisobola obutakola magoba." }, { "english": "News anchors investigate and report current situations in the country.", "luganda": "Abasomi b'amawulire banoonyereza era ne bafulumya amawulire agakwata ku mbeera eba eriwo mu ggwanga.." }, { "english": "A business can get a loan to overcome the financial crisis.", "luganda": "Bizineesi esobola okwewola singa wabaawo obuzibu mu by'ensimbi." }, { "english": "An estimate of the compensation costs was included in the project budget.", "luganda": "Ssente eziteeberezebwa okuliyirira abantu nazo zaateekebwa mu mbalirira ya pulojekiti." }, { "english": "Some people are compensated by the government.", "luganda": "Abantu abamu gavumenti ebaliyirira." }, { "english": "Uganda has received two billion shillings to improve the transport sector.", "luganda": "Uganga efunye ssente obuwumbi bubiri okusobola okutereeza eby'entambula." }, { "english": "There is no money for compensation.", "luganda": "Tewaliwo ssente za kuliyirira." }, { "english": "Most projects aim at improving people's lives.", "luganda": "Pulojekiti nnyingi zirina ekiruubirirwa kya kulongoosa mbeera y'obulamu bw'abantu." }, { "english": "The storm destroyed people's homes.", "luganda": "Omuyaga gwasanyaawo amaka g'abantu." }, { "english": "There has been an increase in the crime rate in Uganda.", "luganda": "Wabaddewo okweyongerayongera kw'obuzzi bw'emisango mu Uganda." }, { "english": "People commit crimes for money and survival.", "luganda": "Abantu bazza emisango basobole okufuna ssente n'okweyimirizaawo." }, { "english": "There has been an increase in the number of women who commit crimes.", "luganda": "Abakazi abazza emisango beeyongedde obungi." }, { "english": "Providing wrong and false information is a crime.", "luganda": "Kimenya amateeka okuwa amawulire amakyamu era ag'obulimba." }, { "english": "Tororo is found in the western part of Uganda.", "luganda": "Tororo esangibwa mu Buvanjuba bwa Uganda." }, { "english": "Tororo Archdiocese led the catholic mass in this year's martyrs celebrations.", "luganda": "Ekereziya enkulu ey'e Tororo ye yakulembera misa y'Abakatoliki ku mukolo gw'okujjukira abajulizi omwaka guno." }, { "english": "Uganda's education system should shift from teaching history to current affairs.", "luganda": "Eby'enjigiriza bya Uganda bisaanidde okuva ku kuyigiriza ebyafaayo bidde ku kuyigiriza ebiba biriwo." }, { "english": "Technical lessons and talent discovery should be encouraged in schools.", "luganda": "Amasomero gasaanidde okukubirizibwa okuyigiriza eby'emikono n'ebyo ebikwata ku bitone abayizi bye baba balina." }, { "english": "The government assured citizens of protection and safety.", "luganda": "Gavumenti yakakasa bannansi baayo nti ejja kubawa obukuumi." }, { "english": "The government should improve the country's internal security.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okutereeza eby'okwerinda by'eggwanga." }, { "english": "More jobs are going to be created during oil production.", "luganda": "Emirimu mingi gijja kutondebwawo ng'amafuta gatandise okufulumizibwa." }, { "english": "Uganda has very many minerals.", "luganda": "Uganda erina eby'obugagga eby'omu ttaka bingi." }, { "english": "The police should protect people and their property.", "luganda": "Poliisi esaanidde okukuuma abantu n'ebintu byabwe." }, { "english": "Road accidents have increased sharply in the country.", "luganda": "Obubenje mu makubo bweyongedde nnyo mu ggwanga." }, { "english": "The traffic police should impose penalties against careless road drivers.", "luganda": "Poliisi y'ebidduka esaanidde okussaawo ebibonerezo eri abo abavugisa ekimama." }, { "english": "It was such a tragedy that the country experienced.", "luganda": "Ensi yayolekagana n'ekizibu kya maanyi nnyo." }, { "english": "Twenty-two lives were claimed in a fatal road accident.", "luganda": "Abantu abiri mu babiri be baafiira mu kabenje ddekabusa." }, { "english": "Pilgrims come from different parts of the country.", "luganda": "Abalamazi bava mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu." }, { "english": "What was the cause of the fire outbreak?", "luganda": "Kiki ekyaviirako omuliro?" }, { "english": "Fire outbreaks lead to the loss of property.", "luganda": "Omuliro gusanyaawo ebintu." }, { "english": "Television broadcasts bring the world closer to people.", "luganda": "Ebyo ebiweerezebwa ku ttivi biyamba abantu okumanya ebiri mu nsi yonna." }, { "english": "Hospitals offer both first aid and treatment.", "luganda": "Amalwaliro gawa obujjanjabi obusookerwako era n'okujjanjabira ddala." }, { "english": "Some people do survive and recover from road accidents.", "luganda": "Akabenje bwe kabaawo abantu abamu tebafa ate abo ababa bakoseddwa basobola okuwona." }, { "english": "The government should build a larger and new sports arena.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okuzimba ebifo ebirala ate nga binene awabeera emizannyo." }, { "english": "There has been advancement in the country's technology.", "luganda": "Tekinologiya yeeyongeddeyongedde mu ggwanga." }, { "english": "The government official encouraged Ugandans to import and buy new cars.", "luganda": "Omukungu wa gavumenti yakubiriza Bannayuganda okuyingiza n'okugula emmotoka empya." }, { "english": "Youths should be encouraged to acquire technical skills.", "luganda": "Abavubuka basaanidde okukubirizibwa okusoma eby'omu mutwe n'eby'emikono." }, { "english": "The competitions were carried out to search for new talent in comedy.", "luganda": "Okuvuganya kubadde kwa kunoonya abalina ebitone mu kuzannya emizannyo egisesa abantu." }, { "english": "There is time for everything in people's lives.", "luganda": "Mu bulamu wabaawo ekiseera eky'okukoleramu buli kintu." }, { "english": "People should establish their faith and trust in God at all times.", "luganda": "Abantu basaanidde okuba n'okukkiriza okunywevu era n'okwesiga Katonda buli kiseera." }, { "english": "People should be patient with one another in order to be in peace and harmony.", "luganda": "Abantu basaanidde okugumiikiriza bannaabwe okusobola okubeera mu mirembe era n'okukolagana." }, { "english": "Forests should be preserved.", "luganda": "Ebibira tebirina kusanyizibwawo." }, { "english": "The government should encourage people to plant trees to replace the ones cut.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okukubiriza abantu okusimba emiti awabadde egyo gye baba batemye." }, { "english": "Some of the pilgrims got to Namugongo on foot.", "luganda": "Abamu batambuza bigere okugenda okulamaga e Namugongo." }, { "english": "Many children in rural areas suffer from diarrhea.", "luganda": "Abaana bangi mu byalo balwala ekirwadde ky'ekiddukano." }, { "english": "Poor sanitation is one of the major causes of diarrhea.", "luganda": "Obukyaafu kye kimu ku bintu ebireeta ekirwadde ky'ekiddukano." }, { "english": "He reported live from our village.", "luganda": "Kigambibwa nti asula mu kyalo kyaffe." }, { "english": "The project will bring a great impact on the agriculture sector in Uganda.", "luganda": "Pulojekiti eno ejja kuganyula nnyo eby'obulimi mu Uganda." }, { "english": "The government invested funds in agricultural inputs.", "luganda": "Gavumenti yateeka ssente nnyingi nnyo mu bintu ebikozesebwa mu bulimi." }, { "english": "The government needs to support the informal sector.", "luganda": "Gavumenti erina okuyamba banneekoleragyange." }, { "english": "Most of the businesses in the informal sector do not pay taxes.", "luganda": "Bizineesi nnyingi ez'abo banneekoleragyange tezisasula misolo." }, { "english": "The news reporter was beaten up by the police.", "luganda": "Omunnamawulire yakubibwa owa poliisi." }, { "english": "The senior bank officials were allegedly accused of fraud.", "luganda": "Abakungu ba bbanka baavunaanibwa gwa bubbi." }, { "english": "A bank was sued for breaching the contract.", "luganda": "Bbanka yakubibwa mu mbuga z'amateeka olw'okumenya endagaano." }, { "english": "More information is given in this report", "luganda": "Ebisingawo ku nsonga eyo biri mu alipoota eno." }, { "english": "The president of the football federation was given another term in office.", "luganda": "Pulezidenti w'ekibiina ekifuga omuzannyo gw'omupiira yaweereddwa ekisanja ekirala okuddamu okukulembera." }, { "english": "The politician was unopposed.", "luganda": "Munnabyabufuzi yayiseemu nga tavuganyiziddwa." }, { "english": "There is high traffic congestion in Kampala.", "luganda": "Obulipagano bw'ebidduka mu Kampala bwa maanyi nnyo." }, { "english": "The immigration department is responsible for regulating travel in and out of Uganda.", "luganda": "Ekitongole kya immigration kye kivunaanyizibwa ku ntalabula y'abantu munda n'ebweru wa Uganda." }, { "english": "Uganda Red Cross has its headquarters in Kampala.", "luganda": "Ekibiina kya Uganda Red Cross kirina ekitebe kyakyo mu Kampala." }, { "english": "You can read more about it.", "luganda": "Osobola okusoma ebirala ebigikwatako." }, { "english": "The incumbent has served as the president of Rwanda for the last twenty years.", "luganda": "Pulezidenti wa Rwanda aliko yakafugira emyaka amakumi abiri." }, { "english": "The leader got the highest number of votes during the presidential elections.", "luganda": "Omukulembeze yafuna obululu obusinga obungi mu kiseera ky'okulonda pulezidenti" }, { "english": "The politician was confident that he would be re-elected for a third term.", "luganda": "Munnabyabufuzi yali mukakafu nti ajja kuddamu okulondebwa ku kisanja eky'okusatu." }, { "english": "The journalist covered the news live from Kigali.", "luganda": "Bannamawulire baawereza amawulire agakwata ku ebyo ebyali bigenda mu maaso nga basinziira Kigali." }, { "english": "The president was the guest of honor at the groundbreaking ceremony.", "luganda": "Pulezidenti ye yali omugenyi omukulu ku mukolo gw'okutongoza." }, { "english": "The construction of the oil pipeline began last week.", "luganda": "Omulimu gw'okuzimba omukutu ogunaatambuza amafuta gwatandika wiiki ewedde." }, { "english": "The club has the best football players in the country.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira eno y'erimu abazannyi abasingayo obulungi mu ggwanga." }, { "english": "Two organizations have sponsored the upcoming football tournament.", "luganda": "Ebibiina bibiri bye bisasulidde empaka z'omupiira ezijja." }, { "english": "He is a sports editor at one of the local television stations.", "luganda": "Akola ng'omukungaanya w'amawulire g'eby'emizannyo ku ttivi emu wano mu ggwanga." }, { "english": "The leader was falsely accused of rape.", "luganda": "Omukulembeze yawaayirizibwa nti yakwata omukazi." }, { "english": "There has been an increase in the number of rape cases.", "luganda": "Wabaddewo okweyongerayongera kw'emisango egyekuusa ku kukwata abakazi." }, { "english": "The police is accused of arresting and torturing a suspect.", "luganda": "Poliisi bagivunaana okukwata omuntu ate n'emutulugunya." }, { "english": "She is the officer in charge of that police post.", "luganda": "Y'akulira poliisi eyo." }, { "english": "The law enforcement officers took away some of the goods confiscated from street vendors.", "luganda": "Abakwasissa amateeka baatwala ebimu ku bintu by'abo abantundira ku nguudo." }, { "english": "Those involved in the illegal selling of goods will be held accountable.", "luganda": "Abo abeenyigira mu kutunda ebintu mu bumenyi bw'amateeka bajja kuvunaanibwa." }, { "english": "Four street vendors were killed yesterday during the chaos.", "luganda": "Abantu bana abatundira ebintu ku nguudo baatibwa jjo mu kasattiro akaaliwo." }, { "english": "The elections in Rwanda were free and fair.", "luganda": "Okulonda kw'e Rwanda kwabadde kwa mazima na bwenkanya." }, { "english": "She has her own opinion about it.", "luganda": "Alina ndowooza yiye ku bubwe ku nsonga eyo." }, { "english": "There is more to the story.", "luganda": "Waliwo ebisingawo ku nsonga eyo." }, { "english": "The minister had a meeting with the district leaders.", "luganda": "Minisita yalina olukungaana n'abakulembeze ba disitulikiti." }, { "english": "The leaders disrespected the minister.", "luganda": "Abakulembe baayisa amaaso mu minisita." }, { "english": "He never made a statement at the police regarding what happened.", "luganda": "Teyakola sitatimenti ku poliisi ku ebyo ebyaliwo." }, { "english": "There were riots in the city center streets.", "luganda": "Waaliwo okwekalakasa mu kibuga wakati." }, { "english": "The headquarters of Kampala Capital City Authority are found at City Hall.", "luganda": "Ekitebe kya Kampala Capital City Authority kiri mu City Hall." }, { "english": "The youth leader who led the protests was arrested.", "luganda": "Omukulembeze w'abavubuka eyakulemberamu okwekalakasa yakwatibwa." }, { "english": "Some government officials don't follow the laws governing the country.", "luganda": "Abakungu ba gavumenti abamu tebagoberera mateeka g'eggwanga lino." }, { "english": "The police has started their investigations in the land issues.", "luganda": "Poliisi etandise okunoonyereza ku nsonga z'eby'ettaka." }, { "english": "As a woman ages her fertility decreases naturally.", "luganda": "Omukazi bw'agenda akula emikisa gye egy'okuzaala gigenda gikendeera." }, { "english": "Nowadays many infertile women use scientific methods to get pregnant.", "luganda": "Ennaku zino abakazi bangi abatakyazaala beeyambisa enkola za sayansi okusobola okufuna embuto." }, { "english": "There are different methods of treating infertility among women.", "luganda": "Waliwo engeri nnyingi ez'okujjanjabamu abakazi abalina emikisa emitono egy'okuzaala." }, { "english": "All factories in town were relocated to the industrial area.", "luganda": "Amakolero gonna agali mu kibuga gasenguddwa ne gatwalibwa mu kibangirizi ky'amakolero." }, { "english": "All the affected people will be compensated.", "luganda": "Abantu bonna abakoseddwa bajja kuliyirirwa." }, { "english": "It has finally come to an end.", "luganda": "Kimaze ne kigwa." }, { "english": "The meeting was postponed to Monday.", "luganda": "Olukungaana lwayongezebwayo okutuuka ku Bbalaza." }, { "english": "Security forces were ordered to leave the home of the opposition leader.", "luganda": "Ab'ey'okwerinda baalagirwa okuva mu maka g'omukulembeze w'oludda oluvuganya." }, { "english": "He was arrested for murdering his wife.", "luganda": "Yakwattibwa lwa kutta mukyala we." }, { "english": "Land in Uganda belongs to its citizens.", "luganda": "Ettaka mu Uganda lya bantu baamu." }, { "english": "We have the right to own property in this country.", "luganda": "Tulina eddembe okuba n'ebintu ebyaffe ku bwaffe mu ggwanga lino." }, { "english": "The chair of the Electoral Commission will announce the results from the presidential elections.", "luganda": "Ssentebe w'akakiiko k'eby'okulonda ajja kulangirira ebivudde mu kulonda pulezidenti." }, { "english": "The presidential elections took place in January this year.", "luganda": "Okulonda pulezidenti kwaliwo mu Jjanwali omwaka guno." }, { "english": "Many people turned up for voting this year compared to the previous years.", "luganda": "Abantu bangi omwaka guno baalonda bw'ogeraageranya n'emyaka egiyise." }, { "english": "We have a crew reporting live in Kenya.", "luganda": "Tulina bannamawulire abagatusakira okuva e Kenya." }, { "english": "This department addresses complaints against police officers.", "luganda": "Ekitongole kino kye kikola ku kwemmulugunya okuba kuleeteddwa nga kukwata ku bapoliisi." }, { "english": "We have a complaint about the behavior of the policemen in our community.", "luganda": "Tulina okwemmulugunya okukwata ku nneeyisa y'abapoliisi mu kitundu kyaffe." }, { "english": "The leaders had a conflict over the sale of government land.", "luganda": "Abakulembeze baalina enkayaana ku bikwata ku kutunda ettaka lya gavumenti" }, { "english": "There is mismanagement of government property by some officials.", "luganda": "Abakungu abamu bakozesa bubi ebintu bya gavumenti." }, { "english": "The minister didn't follow the instructions in carrying out the task.", "luganda": "Minisita teyagoberera bulagirizi ng'akola omulimu ogwo." }, { "english": "The rebel group didn't take part in the peace talking agreements.", "luganda": "Ekibiina ky'abayeekera tekyenyigira mu ntesaganya ez'okukola endagaano ey'emirembe." }, { "english": "The rebel leader refused to sign the agreement until their terms are met.", "luganda": "Omukulembeze w'abayeekera yagaana okussa omukono ku ndagaano okutuusa ng'ensonga yaabwe emaze okukolwako." }, { "english": "We shall never rest until our leaders are freed.", "luganda": "Tetujja kuwummula okutuusa ng'abakulembeze baffe bamaze okuteebwa." }, { "english": "It is recommended to breastfeed a newborn for the first six months.", "luganda": "Kiba kirungi okuyonsa omwana okumala emyezi mukaaga egisooka." }, { "english": "Some mothers prefer to breastfeed their babies for two years.", "luganda": "Abazadde abamu baagala okuyonsa abaana baabwe okumala emyaka ebiri." }, { "english": "If a baby is not breastfeeding directly hand-on pumping is another alternative.", "luganda": "Omwana bw'oba tomuyonseza butereevu oyinza okumukamira amabeere." }, { "english": "The reporter has the details from breastfeeding mothers.", "luganda": "Munnamawulire alina bingi by'amanyi okuva eri abakazi abayonsa." }, { "english": "Many people were forcefully evicted from their land.", "luganda": "Abantu bangi baagobebwa ku ttaka lyabwe." }, { "english": "Some unknown people threatened the woman legislator.", "luganda": "Abantu abatamanyiddwa baatiisatiisa omubaka wa palamenti omukyala." }, { "english": "Everyone in the family now knows about the land wrangles.", "luganda": "Buli muntu mu maka ago kati amanyi enkayaana z'ettaka eziriwo." }, { "english": "He is the new coach of that football team.", "luganda": "Ye mutendesi omuppya owa ttiimu y'omupiira eyo." }, { "english": "Yesterday the tycoon denied all allegations of misappropriation of funds.", "luganda": "Olunaku lwa jjo nnagagga yeegaana byonna ebimwogerwako nti yabulankanya ssente." }, { "english": "The bank is not supposed to disclose any of its customers' details.", "luganda": "Bbanka tekkirizibwa kwatuukiriza kintu kyonna kikwata ku kasitoma waayo." }, { "english": "Ten people were killed during the deadly protests in the city center.", "luganda": "Abantu kkumi baatibwa mu kwekalakasa okw'amaanyi okwali mu kibuga." }, { "english": "The speaker has suspended five legislators over a fight about the presidential age limit.", "luganda": "Omwogezi wa palamenti ayimirizza ababaka bataano olw'okulwana ku nsonga ezikwata ku kkomo ku myaka." }, { "english": "They were arrested later.", "luganda": "Oluvannyuma baakwatibwa." }, { "english": "The news reporter will give the details in the news tonight.", "luganda": "Mu mawulire g'ekiro omusasi w'amawulire ajja kulambulula ebyabaddewo." }, { "english": "The team is left with one match to play.", "luganda": "Ttiimu esigaziza kuzannya mupiira gumu." }, { "english": "He is the current president of the football association.", "luganda": "Ye pulezidenti aliko mu kiseera kino ow'ekibiina ekifuga omupiira." }, { "english": "The high court has dismissed his application.", "luganda": "Kkooti enkulu egobye okusaba kwe." }, { "english": "The high taxes have affected hotel owners.", "luganda": "Emisolo egya waggulu gikosezza bannanyini wooteeri." }, { "english": "Some hotel owners have failed to pay their debts forcing many out of business.", "luganda": "Bannanyini wooteeri abamu balemereddwa okusasula amabanja gaabwe era kino kiwaliriza bangi okuva mu bizineesi." }, { "english": "As a role model he demonstrated how mind and spirit combine to overcome difficulties.", "luganda": "Ng'oyo assaawo ekyokulabirako yalaga engeri ebirowoozo n'omwoyo gye bikolera awamu okuwangula ekizibu." }, { "english": "The election results were announced after three days.", "luganda": "Ebyava mu kulonda byalangirirwa luvannyuma lw'ennaku ssatu." }, { "english": "The news reporter was promoted to a news anchor.", "luganda": "Omusasi w'amawulire yakuzibwa n'afuuka omusomi w'amawulire." }, { "english": "There are three candidates contesting for the presidential seat.", "luganda": "Waliwo abantu basatu abeesimbyewo okuvuganya ku ntebe ya pulezidenti." }, { "english": "The opposition leader wants to overthrow the long-serving president.", "luganda": "Omukulembeze w'oludda oluvuganya ayagala kummamulako pulezidenti amaze emyaka mingi ng'afuga." }, { "english": "Uganda's female presidential candidate believes she is the right person for the seat.", "luganda": "Omukyala eyeesimbyewo okuvuganya ku ntebe ya pulezidenti mu Uganda agamba nti ye muntu omutuufu okutwala entebe eyo." }, { "english": "The company manager was arrested and detained last week.", "luganda": "Manejja wa kampuni eyo yakwatibwa wiiki ewedde era n'asibibwa." }, { "english": "He is suspected to have stolen money from the government.", "luganda": "Ateeberezebwa okuba nga yabba ssente mu gavumenti." }, { "english": "The journalist gave a full report of the story.", "luganda": "Munnamawulire yawa alipoota enzijuvu ku nsonga eyo." }, { "english": "Five acres of maize were destroyed by the hail storms.", "luganda": "Yikka ttaano eza kasooli omuzira gwazisanyaawo." }, { "english": "The heavy rains destroyed people's homes.", "luganda": "Enkuba ey'amaanyi yasanyaawo amaka g'abantu." }, { "english": "The report will be submitted at the end of the study.", "luganda": "Alipoota ejja kuweebwayo oluvannyuma lw'okwekennenya." }, { "english": "Uganda has created a strong partnership with her neighbors.", "luganda": "Uganda etaddewo enkolagana ya maanyi nnyo ne baliraanwa baayo." }, { "english": "Foreign investors were invited into the country.", "luganda": "Abasigansimbi abagwiira baayitibwa okujja mu ggwanga." }, { "english": "Kaggwa was a human rights advocate at Uganda Human Rights Commission.", "luganda": "Kaggwa yali muwolereza w'eddembe ly'obuntu mu Uganda Human Rights Commission." }, { "english": "The assembly drafted the 1959 Constitution.", "luganda": "Olukiiko lwabaga ssematteeka wa lukumi mu lwenda ataano mu mwenda" }, { "english": "The parliament sat from one thousand nine hundred ninety-six to two thousand one.", "luganda": "Paalamenti yatuula okuva mu lukumi mu lwenda kyenda mu mukaaga okutuusa mu nkumi bbiri mu gumu." }, { "english": "East Africa Legislative Assembly is based in Arusha Tanzania.", "luganda": "Akakiiko akakozi k'amateeka ak'obugwanjuba bwa Afirika kaasinziira mu Arusha Tanzania." }, { "english": "Kaggwa spent the last three years in the spotlight.", "luganda": "Kaggwa yamala emyaka gye esatu egyasembayo mu bitaala." }, { "english": "He was often before the parliament human rights committee to assure legislators of the efforts.", "luganda": "Yalinga mu maaso g'akakiiko ka paalamenti ak'eddembe ly'obuntu okukakasa abakozi b'amateeka ku kaweefube." }, { "english": "It was during his time that the Nalufenya police station in Jinja rose.", "luganda": "Kyali mu kiseera kye sitenseni ya poliisi ey'e Nalufenya mu Jinja we yatandikira." }, { "english": "Kaggwa participated in the closure of Nalufenya.", "luganda": "Kaggwa yeetaba mu kuggala Nalufenya." }, { "english": "Internal Security Organization was severally accused of torturing suspects.", "luganda": "Ekitongole ky'ebyokwerinda ekyomunda mu ggwanga kyanenyezebwa nnyo mu kutulugunya abateeberezebwa." }, { "english": "He spent nearly thirty years in the promotion of constitutionalism and good governance.", "luganda": "Yamala ebbanga kyenkana lya myaka asatu mu kutumbula enkozesa y'amateeka n'obukulembeze obulungi." }, { "english": "Kaggwa was pronounced dead at Case Hospital on November twentieth.", "luganda": "Kaggwa yabikibwa ku ddwaliro lya Case Hospital nga abiri ogwekkumi n'ogumu." }, { "english": "He lost consciousness in his car around Mulago Kampala.", "luganda": "Yazirikira mu mmotoka ye mu bitundu bya Mulago e Kampala." }, { "english": "Kaggwa did his best under very difficult circumstances.", "luganda": "Kaggwa yakola ky'asobola mu mbeera enzibu." }, { "english": "Kaggwa visited me in military detention and told the world what was going on.", "luganda": "Kaggwa yankyalira nga ndi mu kkomera lya miritale n'agamba ensi ekyali kigenda mu maaso." }, { "english": "Kojan is a Congolese doctor.", "luganda": "Kojan musawo mu Congo." }, { "english": "He spent thirty minutes with the patient.", "luganda": "Yamala eddakiika asatu n'omulwadde." }, { "english": "The patient died soon afterward.", "luganda": "Omulwadde yafudde amangu ddala oluvannyuma." }, { "english": "I was frustrated.", "luganda": "Nanyiizibwa" }, { "english": "We have to find a way to give really good care to patients.", "luganda": "Tuyina okuzuula engeri ey'okulabiriramu obulungi abalwadde." }, { "english": "Kojan came up with a way out.", "luganda": "Kojan yafuna engeri ey'okukikolamu." }, { "english": "The infectious disease was too serious.", "luganda": "Obulwadde obusiigibwa bwali bubi nnyo" }, { "english": "Kojan conceptualized it after.", "luganda": "Kojan yakisalidde amagezi oluvannyuma." }, { "english": "They saw patients with highly infectious diseases being cared for in special isolation units", "luganda": "Baalaba abalwadde b'obulwadde obusiigibwa amangu nga balabirirwa mu busenge obweyawulidde." }, { "english": "Kojan worked with the French.", "luganda": "Kojan yakola n'Abafalansa." }, { "english": "The temperature can be controlled.", "luganda": "Ebbugumu oba obunnyogovu bisobola okukakkanyizibwa." }, { "english": "They ensure that the patient gets better.", "luganda": "Bafuba okulaba nti omulwadde atereera." }, { "english": "Patients can now be cared for closer to their communities.", "luganda": "Abalwadde kati basobola okulabirirwa okumpi n'ebitundu byabwe." }, { "english": "There is a high level of mistrust among communities that see patients being taken away and returned dead.", "luganda": "Waliwo obutali bw'esigwa bungi mu bitundu ebiraba abalwadde nga batwalibwa ne baddizibwa nga bafu." }, { "english": "Relatives and friends have no idea of what has happened to them.", "luganda": "Ab'oluganda n'abemikwano tebayina kye bamanyi ku kibatuuseeko." }, { "english": "Kojan says the family can come and see the patient.", "luganda": "Kojan agamba ab'enganda basobola okujja ne balaba omulwadde." }, { "english": "Life changed with the new treatment.", "luganda": "Obulamu bwakyuka na nzijanjaba ndala." }, { "english": "Dr. Kojan's invention of the portable Ebola treatment unit is being celebrated.", "luganda": "Obuyiiya bwa dokita Kojan obw'enzijanjaba ya Ebola etambuzibwa buli mu kujjagulizibwa." }, { "english": "He was recently honored and awarded for the invention and his work.", "luganda": "Baamusiimye jjo ly'abalamu era ne bamuwa n'engule ey'obuyiiya n'emirimu gye." }, { "english": "The leader was attending a meeting in Abu Dhabi.", "luganda": "Omukulembeze yabadde ali mu lukiiko mu Abu Dhabi" }, { "english": "It is convened by His Highness Sheikh Mohamed bin Zayed.", "luganda": "Lukubiriziddwa ow'ekitiibwa Sheikh Mohamed bin Zayed." }, { "english": "Professor Peter Piot is one of the award judges and directors.", "luganda": "Pulofeesa Peter Piot y'omu ku balamuzi era ssenkulu eyasiimibwa." }, { "english": "Health workers are at high risk for acquiring Ebola infection.", "luganda": "Abajjanjabi bali mu katyabaga k'amaanyi okukwatibwa Ebola." }, { "english": "In West Africa over five hundred health workers died.", "luganda": "Mu Bugwanjuba bwa ssemazinga Afirika abajjanjabi abasukka mu bitaano baafa." }, { "english": "That's the reason you see people walking around in space suits.", "luganda": "Y'ensonga lwaki olaba abantu nga batambulatambula mu byambalo by'obwengula." }, { "english": "Professor Piot is one of the researchers who first discovered Ebola.", "luganda": "Pulofeesa Piot y'omu ku banoonyereza abasooka okuzuula Ebola." }, { "english": "I'm an old-fashioned physician and I think touch is very important in medicine.", "luganda": "Ndi musawo ow'omulembe omukadde era ndowooza nti okukwatibwako kwa mugaso munene mu by'eddagala." }, { "english": "When you draw blood you need feeling in your fingers.", "luganda": "Bw'oggyako omusaayi weetaaga engalo zo okuba nga zizannya." }, { "english": "This Cube allows a better dialogue with patients and it brings back humanity.", "luganda": "Ccuubu eno ekkiriza okuwuliziganya obulungi n'abalwadde era kikomyawo obw'obuntu." }, { "english": "It's a game-changer for caring for patients with Ebola and other highly infectious diseases", "luganda": "Kya mugaso nnyo mu kulabirira abalwadde ba Ebola n'endwadde endala ezisiiga amangu" }, { "english": "Dr. Kojan agrees: \"In the traditional suit it's not possible to monitor the patient.", "luganda": "Dokita Kojana akkiriza nti mu ssuuti ezasookawo si kyangu okulondoola omulwadde." }, { "english": "Frontline workers receive their Reach awards.", "luganda": "Abakozi ab'oku mwanjo bafuna okusiimibwa kwabwe." }, { "english": "Richard Kojan Olivia Ngou and Rahane Lawal worked to tackle polio Ebola and malaria", "luganda": "Richard Kojan Olivia Ngou ne Rahane Lawal baakola okufufugaza ppooliyo Ebola n'omusujja gw'ensiri." }, { "english": "Pictured with Bill Gates and Sheikh Mohamed bin Zayed Crown Prince of Abu Dhabi.", "luganda": "Baakubwa ekifaananyi ne Bill Gates wamu ne Seeka Mohamed bin zayed omulangira wa Abu Dhabi." }, { "english": "China has accused Zimbabwe of making a \"serious mistake\".", "luganda": "China ennenyezza Zimbabwe olw'okukola ensobi ey'amaanyi." }, { "english": "It gave aid to the southern African nation.", "luganda": "Kyawa obuyambi eri eggwanga lya South Afirika." }, { "english": "At the time of his death he was the chairman of the Uganda Human Rights Commission.", "luganda": "Mu kiseera ky'okufa kwe ye yali ssentebbe w'akakiiko ka Uganda ak'eddembe ly'obuntu." }, { "english": "Under his administration Uganda Human Rights Commission maintained its standards.", "luganda": "Wansi w'obukulembeze bwe akakiiko ka Uganda ak'eddembe ly'obuntu kaakuuma omutindo." }, { "english": "Under his term Uganda Human Rights Commission received an award.", "luganda": "Mu kisanja kye akakiiko ka Uganda ak'eddembe ly'obuntu kaafuna awaadi." }, { "english": "Speaker of Parliament Rebecca Kadaga described Kaggwa as a \"big advocate for human rights\"", "luganda": "Omukubiriza wa Paalamenti Rebecca Kadaga yanyonnyola Kaggwa nga omuwolereza w'eddembe ly'obuntu omukulu." }, { "english": "She said Kaggwa always delivered his reports within the statutory period.", "luganda": "Yagamba nti Kaggwa yawangayo lipooti ze mu kiseera wezaagalibwa." }, { "english": "Kaggwa served as a special rapporteur on prisons and conditions of detention.", "luganda": "Kaggwa yaweereza ng'omuwandiisi w'alipoota ku makomera n'embeera y'obusibe." }, { "english": "Kaggwa was known as a human rights advocate by virtue of his position.", "luganda": "Kaggwa yamanyibwa nga omuwolereza w'eddembe ly'obuntu olw'enneeyisa ye mu bukulembeze bwe." }, { "english": "He was a delegate of the one thousand nine hundred ninety-four Constituent.", "luganda": "Yali mubaka omulonde owa konsitituwensi olukumi mu lwenda kyenda mu nnya." }, { "english": "This position catapulted him to the sixth parliament of Uganda.", "luganda": "Ekifo kino kyamwanguyiza okuyingira mu paalamenti ya Uganda ey'omukaaga." }, { "english": "In between Kaggwa served as a minister for political affairs in the office of the President", "luganda": "Mu makkati awo Kaggwa yaweereza nga minisita w'ensonga z'ebyobufuzi mu woofiisi ya Pulezidenti." }, { "english": "Kaggwa also served as a representative of Uganda in the East Africa Legislative Assembly.", "luganda": "Kaggwa era yaweereza nga omubaka wa Uganda mu paalamenti yobuvanjuba." }, { "english": "A lawyer by profession.", "luganda": "Omulimu gwa bunnamateeka." }, { "english": "Fight against torture.", "luganda": "Lwanyisa okutulugunya." }, { "english": "He faced a tough time in office.", "luganda": "Yasanga akaseera akazibu mu woofiisi." }, { "english": "Kampala Central Member of Parliament Mohammed Nsereko said Kaggwa will be remembered.", "luganda": "Omubaka wa Paalamenti ow'amasekkati ga Kampala Muhammad Nsereko yagamba nti Kaggwa ajja kujjukirwa." }, { "english": "Ugandans were grappling with the re-emergence of safe houses as torture havens.", "luganda": "Bannayuganda baali bameggana n'okuzuukusibwa kw'amayumba agatulugunyizibwamu." }, { "english": "Kaggwa was a commissioner and former chairman of the Independent Permanent Human Rights Commission.", "luganda": "Kaggwa yali kamisona era ssentebbe w'akakiiko k'eddembe ly'obuntu aketongodde." }, { "english": "The organization described him as a skilled legal practitioner.", "luganda": "Ekitongole kyamunyonnyola nga munnamateeka omukugu era ayagala okukola omulimu gwe." }, { "english": "The public reacted with shock when news broke.", "luganda": "Abantu baagwamu ekikangabwa ng'amawulire gamaze okubatuukako." }, { "english": "He was on his way to work when he lost consciousness in his car.", "luganda": "Yali mu lugendo lwe okugenda okukola we yazirikira mu mmotoka." }, { "english": "Presidential aspirant Bobi Wine said Kaggwa did his best.", "luganda": "Avuganya ku bwa Pulezidenti Bobi Wine yagamba nti Kaggwa yakola ky'asobola." }, { "english": "During the Arua ordeal Kaggwa visited me.", "luganda": "Mu kaseera ka kasambattuko mu Arua Kaggwa yankyalira." }, { "english": "Despite working under a military dictatorship Med always tried to promote rights.", "luganda": "Newankubadde yakolera wansi w'obufuzi bwa nnakyemalira Med yagezangako okutumbula eddembe ." }, { "english": "Kaggwa attained a law degree from Makerere University.", "luganda": "Kaggwa yafuna digguli y'amateeka okuva mu ssettendekero wa Makerere." }, { "english": "He followed up a diploma in legal practice at the Law Development Centre.", "luganda": "Yagoberezaako dipulooma mu by'amateeka ku Law Development Centre." }, { "english": "Not long after his diploma he was recalled at Law Development Center.", "luganda": "Nga ebbanga si ddene nnyo oluvannyuma lwa dipulooma baddamu ne bamuyita ku Law Development Centre" }, { "english": "After Law Development Center he worked for the Libyan Arab Foreign Bank.", "luganda": "Oluvannyuma lwa Law Development Centre yakolera bbanka ya Libyan Arab Foreign Bank." }, { "english": "He was a commissioner in charge of the Uganda Constitutional Commission.", "luganda": "Yali kamisona akuulira akakiiko ka Uganda ak'ebyamateeka." }, { "english": "He served as board secretary of the Uganda Revenue Authority.", "luganda": "Yaweereza nga omuwandiisi wa Uganda Revenue Authority." }, { "english": "He was a member of the Makerere University Council.", "luganda": "Yali munnakibiina w'akakiiko ka ssettendekero wa Makerere." }, { "english": "He also offered his services as vice-chairperson of Kyambogo University Council.", "luganda": "Era yaweerezaako ng'omumyuka wa ssentebe ku kakiiko akakulembera ssettendekero y'e Kyambogo." }, { "english": "He is survived by a wife and six children.", "luganda": "Abeera ne mukyala we n'abaana mukaaga." }, { "english": "Kaggwa was laid to rest at his ancestral home in Mpambire Mpigi district.", "luganda": "Kaggwa yagalamizibwa ku bijja bya bajjajja be e Mpambire mu disitulikiti y'e Mpigi" }, { "english": "The local art fraternity is almost familiar with the name Leonardo Da Vinci.", "luganda": "Bannakisaawe kya art abawano abasinga obungi bamanyi erinnya Leonardo Da Vinci." }, { "english": "For the rest of the public the name may sound unfamiliar.", "luganda": "Eri abantu abalala erinnya liwulikika nga eppya." }, { "english": "Leonardo conceptualized these as ingenious objects over five hundred years ago.", "luganda": "Leonardo yafuna ekirowoozo kya bino ng'ebintu ebiyiiye okumala emyaka bitaano emabega" }, { "english": "An exhibition of some of his work has come to Kampala.", "luganda": "Omwoleso kw'egimu ku mirimu gye guzze mu Kampala." }, { "english": "The exhibit dubbed \"Leonardo Opera Omnia\" showcases prints of the Mona Lisa.", "luganda": "Omwoleso gwakazibwako \"Leonardo Opera Omnia\" gwolesa enkululo za Mona Lisa." }, { "english": "The exhibition has seventeen works of Da Vinci.", "luganda": "Omwoleso gulina emirimu gya Da Vin-ci kkumi na musanvu." }, { "english": "Kampala is one of the only two destinations in Africa the exhibition is showing.", "luganda": "Kampala y'emu ku bifo ebibiri mu Afirika omwoleso we gulagibwa." }, { "english": "The other is Addis Ababa Ethiopia", "luganda": "Ekifo ekirala kye kya Addis Ababa ethiopia." }, { "english": "The aptitude of the artist is visible in the technique of color application on canvas.", "luganda": "Obusobozi bw'omukubi w'ebifaananyi bulabikira mu kakodyo ka langi esiigiddwa ku Canvas." }, { "english": "In fact the latter painting acquires its timeless revered identity.", "luganda": "Mu byaddala ekisiige ekikadde kifuna okumanyibwa n'ekitiibwa ebbanga lyonna." }, { "english": "The exhibit marks five hundred years of the artist.", "luganda": "Omwoleso gulambika emyaka gy'omukubi w'ebifaananyi ebitaano." }, { "english": "It also probes the critical role played by European art masters like Leonardo.", "luganda": "Era kibuuliriza ebibuuzo bingi ku mugaso gw'abakugu ba art mu bazungu nga Leonardo." }, { "english": "Many artists learn these elements and principles in art school.", "luganda": "Abasiizi b'ebifaananyi bangi bayiga ensonga zino n'amateeka mu ssomero lya art." }, { "english": "Italy is sponsoring this exhibition which in the past consistently sponsored several local cultural initiatives.", "luganda": "Italy y'evujjirira omwoleso guno kye yakola akagenderezo emabega okuvujjirira obuyiiya bw'ebyobuwangwa." }, { "english": "The Embassy has previously supported art exhibitions.", "luganda": "Emabega ekitebe ky'ensi kiyambye emyoleso gy'ebifaananyi." }, { "english": "An exhibition offers the public a rare opportunity to view firsthand the classical masterpieces.", "luganda": "Omwoleso guyamba abantu okufuna akaseera akatasangika okulaba ebisiige eby'omutindo." }, { "english": "This is the same concept that possessed Leonardo Da Vinci.", "luganda": "Eno y'endowooza y'emu eyakwata Leonardo Da Vinci." }, { "english": "The exhibition opened on nineteenth November at the Uganda Museum Kampala", "luganda": "Omwoleso gwaggulawo ku kkumi na mwenda Ogwekkumi n'ogumu ku tterekero ly'ebyobuwangwa mu Kampala." }, { "english": "China has accused Zimbabwe of making a \"serious mistake\".", "luganda": "China enenyezza Zimbabwe okukola ensobi ey'amaanyi." }, { "english": "Zimbabwean Finance Minister Mthuli Ncube said the country receives money from donor countries.", "luganda": "Minisita w'ebyensimbi Mthuli Ncube ow'e Zimbabwe yagambye ensi efuna ssente okuva mu nsi engabi z'obuyambi." }, { "english": "The Chinese embassy in Harare put the figure.", "luganda": "Ekitebe kya China mu Harare kyateekawo omuwendo." }, { "english": "This is a very serious mistake.", "luganda": "Eno ensobi ya maanyi." }, { "english": "The Zimbabwean officials must give a full and convincing explanation.", "luganda": "Abakungu ba Zimbabwe balina okuwa okunyonnyola okujjuvu okumatiza." }, { "english": "Zimbabwe's Ministry of Information Publicity and Broadcasting responded.", "luganda": "Minisitule y'e Zimbabwe ey'ebyamawulire okuwuliziganya n'ebiragibwa yayanukudde." }, { "english": "A grieving family took their relative's corpse in a body bag to the office.", "luganda": "Amaka aagali mu kunyolwa gaatwalira omulambo gw'owooluganda mu nsawo y'emirambo ku woofiisi." }, { "english": "Thandaza Mtshali and her aunt Ntombenhle Mhlongo were filmed carrying the body of a relative.", "luganda": "Thandaza Mtshali ne senga we Ntombenhle Mhlongo baakwatibwa ku katambi nga basitudde omulambo gw'owooluganda." }, { "english": "The company had refused to pay out on a funeral policy claim.", "luganda": "Kampuni yabadde egaanye okusasula ebbanja ly'emitendera gy'olumbe." }, { "english": "The family said they were left 'distraught and traumatized'.", "luganda": "Amaka gagamba gaalekeddwa mu bulumi n'ekikangabwa." }, { "english": "Ms. Ntombenhle told News twenty-four: \"We are not rich people\"", "luganda": "Mukyala Ntomben-hle yagambye ab'amawulire ba News twenty-four: Tetuli bantu bagagga." }, { "english": "We are poor and they were refusing to pay us", "luganda": "Tuli baavu era babadde bagaanye okutusasula." }, { "english": "We had been trying for nine days to get it settled.", "luganda": "Tubadde tugezaako okumala ennaku mwenda okukimalirirza" }, { "english": "We thought if the documents do not give them enough answers.", "luganda": "Twalowooza nti ebiwandiiko biyinza obutabawa kyakuddamu kimala." }, { "english": "He experienced a lot while responding to the Ebola pandemic in West Africa.", "luganda": "Yayita mu bingi nga ali mu kulwanyisa ekirwadde kya Ebola mu bugwanjuba bwa Afirika." }, { "english": "The time was not enough for the patient to wait.", "luganda": "Obudde bwali tebumala mulwadde kulinda." }, { "english": "It was not possible to give good care to that patient", "luganda": "Kyali tekisoboka okulabirira obulungi omulwadde ." }, { "english": "He said that at the end of the outbreak in West Africa.", "luganda": "Ekyo yakyogera ku nkomerero y'ekirwadde ekyabalukawo mu bugwanjuba bwa Afirika." }, { "english": "The way out is making innovative concepts.", "luganda": "Engeri ey'okukiyitamu kwe kukola endowooza ezizimba." }, { "english": "It allows health workers to monitor the patient.", "luganda": "Kiyamba abasawo okulondoola abalwadde." }, { "english": "Kojan and his colleagues at Alima visited hospitals in France and the United Kingdom.", "luganda": "Kojan ne banywanyi be nga bali mu Alima baakyalira amalwaliro mu Bufalansa ne mu Bungereza." }, { "english": "Highly infectious diseases include Ebola.", "luganda": "Obulwadde obusiiga amangu mulimu ne Ebola." }, { "english": "Kojan and his colleagues brought a Congolese inventor.", "luganda": "Kojan ne banywanyi be baaleeta omuvumbuzi omukongo." }, { "english": "They are also easy to set up in about ninety minutes.", "luganda": "Era byangu okupanga mu ddakiika nga kyenda." }, { "english": "Family and friends can visit.", "luganda": "Abooluganda n'emikwano basobola okukyala." }, { "english": "They are returned in body bags.", "luganda": "Bakomezebwawo mu nsawo z'emirambo." }, { "english": "It has all happened in the intervening period", "luganda": "Byonna bibaddewo mu makkati w'ebiseera." }, { "english": "The patient can also see the family and who is treating them.", "luganda": "Omulwadde asobola okulaba aboluganda n'abamujjanjaba." }, { "english": "He said it changed for health workers patients and families.", "luganda": "Yagamba kyakyusizza abasawo abalwadde n'abafamile." }, { "english": "It is celebrated as a game-changer.", "luganda": "Kyogerwako ng'ekikyusa embeera." }, { "english": "He was awarded by the Reaching the Last Mile forum in Abu Dhabi.", "luganda": "Yaweebwa awaadi aba Last forum mu Abu Dhabi." }, { "english": "It comprises health leaders from across the globe.", "luganda": "Kizingiramu abakulembeze b'ebyobulamu okwetooloola ensi yonna." }, { "english": "Mohamed bin Zayed is the Crown Prince of Abu", "luganda": "Muhamed bin Zyed ye mulangira wa Abu Dhabi" }, { "english": "Peter Piot is the director of the London School of Hygiene and Tropical Medicine.", "luganda": "Peter Piot ye ssenkulu w'essomero lya London School of Hygiene ne Tropical Medicine." }, { "english": "The problem is health workers are exposed.", "luganda": "Ekizibu kiri nti abakozi b'ebyobulamu bali nnyo ku mwanjo mu kusiigibwa obulwadde." }, { "english": "The suits were also intimidating for patients.", "luganda": "Ebyambalo byali bitiisa abalwadde." }, { "english": "Doctor Kojan agrees that it's not possible to monitor the patient properly.", "luganda": "Dokita Kojan akkiriza nti si kyangu okulondoola abalwadde obulungi." }, { "english": "The workers received the awards at the Last Mile forum at Louvre Abu Dhabi.", "luganda": "Abakozi baafuna awaadi ku lukungaana lwa Last Mile forum e Louvre mu Abu Dhabi." }, { "english": "Zimbabwe massively understood how much financial aid it gave to the southern African nation.", "luganda": "Zimbabwe yategeera nnyo omuwendo gw'obuyambi bw'ensimbi bwe yawa eggwanga ly'amaserengeta ga Afirika" }, { "english": "He had clocked ten years in the position.", "luganda": "Yali akulungudde emyaka kkumi mu kifo." }, { "english": "The Commission received an award as the best National Human Rights Institution.", "luganda": "Akakiiko kaafuna awaadi ey'ekitongole ky'eddembe ly'obuntu ekisinga." }, { "english": "Kaggwa served for the African Human Rights Commission.", "luganda": "Kaggwa yaweereza eri akakiiko ka Afirikan Human Rights Commission" }, { "english": "Med always tried to promote rights under very difficult circumstances.", "luganda": "Med yagezangako okutumbula eddembe mu biseera by'embeera enzibu." }, { "english": "Kaggwa attained a Master of Laws degree from the National University of Ireland.", "luganda": "Kaggwa yattikirwa ddiguli ey'okubiri mu by'amateeka okuva mu ssettendekero wa National University of Ireland." }, { "english": "He taught from one thousand nine hundred eighty-two to one thousand eighty-four.", "luganda": "Yasomesa okuva mu lukumi mu lwenda kinaana mu bbiri okutuuka ku lukumi kinaana mu nnya." }, { "english": "He worked as a bank secretary and head of legal services for seven years.", "luganda": "Yawereza ng'omuwandiisi wa bbanka era nga ssenkulu w'ebyamateeka okumala emyaka musanvu." }, { "english": "He was in charge of publicity", "luganda": "Ye yali akwasaganya eby'okubunyisa amawulire." }, { "english": "From one thousand nine hundred ninety-one to one thousand nine hundred ninety-six.", "luganda": "Okuva mu lukumi mu lwenda kyenda mu gumu okutuuka mu lukumi lwenda kyenda mu mukaaga." }, { "english": "From one thousand nine hundred ninety-nine to two thousand two.", "luganda": "Okuva mu lukumi mu lwenda kyenda mu gumu okutuuka mu nkumi bbiri mu ebiri." }, { "english": "He was a vice-chairperson from two thousand four until he died.", "luganda": "Yali mumyuka wa ssentebe okuva mu nkumi bbiri mu ena okutuuka weyafiira." }, { "english": "Med Kaggwa of Uganda's human rights boss dies.", "luganda": "Med Kaggwa ssenkulu w'eddembe ly'obuntu mu Uganda afa." }, { "english": "Leonardo Da Vinci was a classical European painter.", "luganda": "Leonardo Da Vinci yali Mungereza omusiizi w'ebifaananyi omusuffu" }, { "english": "The name correlates with modern science innovations.", "luganda": "Erinnya liyina enkolagana ne tekinologiya ow'ebiseera by'omumaaso ow'omulembe n'ebiyiiye bya sayansi." }, { "english": "Today they continue to be an inspiration to more technological innovations.", "luganda": "Olwaleero byongera okuwa amaanyi obuyiiya bwa tekinologiya obulala." }, { "english": "Among other outstanding works is an Italian artist.", "luganda": "Mu mirimu emirala emisuffu mulimu n'egya abasiizi aba Yitale." }, { "english": "The works were collected from more than ten countries across the world.", "luganda": "Emirimu gya kungaanyizibwa okuva mu nsi ezisukka mu kkumi okwetooloola ensi yonna." }, { "english": "The artist intended to control the light from both sides.", "luganda": "Omusiizi w'ebifaananyi yagenderera okukendeeza ekitangaala okuva ku njuyi zombi" }, { "english": "The painting has an elusive smile of the female subject.", "luganda": "Ekisiige kiyina okumwenya okutasangika okw'omukyala eyasiigibwa." }, { "english": "The show in Kampala invites conversations on how artists can produce art.", "luganda": "Okwolesa mu Kampala kuyita okwogerezeganya ku ngeri bannabisiige gye basobola okufulumyamu ebisiige." }, { "english": "Artists in art school learn by studying artists like Leonardo Da Vinci's artworks.", "luganda": "Bannabisiige mu masomero g'okusiiga bayiga nga basoma ku bisiige nga ebya Leonardo Da Vinci." }, { "english": "The initiatives include the film festivals and \"Leonardo Opera Omnia\" exhibit.", "luganda": "Ebikolebwa bizingiramu ebikujjuko bya firimu n'omwoleso gwa Leonardo Opera Omnia." }, { "english": "The art exhibitions were both at Makerere art gallery and Nommo Gallery", "luganda": "Omwoleso gw'ebisiige gwali mu galale y'ebifaananyi e Makerere ne mu galale ya Nommo." }, { "english": "The exhibition provides a platform to build more important relationships.", "luganda": "Omwoleso guteekawo omwaganya okuzimba enkolagana ey'omugaso endala." }, { "english": "He envisioned the discipline of drawing music botany science and engineering.", "luganda": "Yayolesa empisa y'okukuba ebifaananyi enyimba ensoma y'ebimera sayansi n'obwayingginiya." }, { "english": "The mistake is in massively understating how much financial aid.", "luganda": "Ensobi eri mu kunyooma okw'amaanyi omuwendo gw'obuyambi." }, { "english": "In the year through September of which just thirty-six dollars came from China.", "luganda": "Mu mwaka okuyita mu gwomwenda ddoola asatu mu mukaaga zava China." }, { "english": "The figure was close to one hundred thirty-seven million dollars.", "luganda": "Omuwendo gwali nga miriyoni ddoola kikumi asatu mu musanvu." }, { "english": "Deputy ambassador Zhao Baogang said immediately after the figures were released.", "luganda": "Omumyuka w'ambasadda Zhao Baogang yayogererawo oluvanyuma lw'omuwendo okufulumizibwa." }, { "english": "The ministry responded by saying it was holding talks with Chinese officials.", "luganda": "Minisitule yazzeemu ng'egamba nti yali eyogereganya n'abakungu ba China." }, { "english": "The body was taken to the office of an insurance company.", "luganda": "Omulambo gwatwaliddwa mu woofiisi mu kampuni ya yinsuwa." }, { "english": "They carried the body into the office of the African insurance company.", "luganda": "Baatwala omulambo mu woofiisi ya kampuni ya African insurance." }, { "english": "The funeral policy claim approximately eight million Uganda shillings.", "luganda": "Omuwendo gw'olumbe ogusasulibwa guli siringi za Uganda miriyoni munaana" }, { "english": "The family couldn't afford funeral costs.", "luganda": "Amaka gaali tegasobola kusasula ssente z'amaziika." }, { "english": "They at first told us it would only take forty-eight hours to sort out.", "luganda": "Okusooka baatugamba nti kiyinza okutwala essaawa ana mu munaana zokka okutereezebwa." }, { "english": "We thought maybe the body will give them enough answers.", "luganda": "Twalowooza nti obolyawo omulambo gunaabawa eby'okuddamu ebimala." }, { "english": "The pandemic killed many people in the Democratic Republic of Congo.", "luganda": "Ekirwadde kyatta abantu bangi mu democratic Republic of Congo." }, { "english": "A health worker needed to monitor the patient as the normal medical procedure requires.", "luganda": "Omusawo yetaagisa okulondoola omulwadde nga enkola y'okujjanjaba bwe yetaagisa." }, { "english": "They can also check their vital signs and administer certain treatments from the exterior.", "luganda": "Basobola era okukebera emikono gyabwe egyetaagisa era ne bakola n'okujjanjaba okuva ebweru." }, { "english": "The hospitals had a high-level isolation unit", "luganda": "Amalwaliro gaayina ebisenge eby'okweyawuliramu ebiri ku mutindo." }, { "english": "They share insights and best practices on how to map out eliminate and eradicate infectious diseases.", "luganda": "Bagabana okutegeeragana okwomunda n'enkola ennungi ku ngeri y'okufunza okwawula n'okugyamu obulwadde obusiiga amangu." }, { "english": "Mohamed bin Zayed is committed to ending preventable diseases.", "luganda": "Muhamed bin Zayed yeewaddeyo okukomya obulwadde obwewalika." }, { "english": "Professor Peter is the one who described Ebola.", "luganda": "Pulofeesa Peter ye yannyonyola Ebola." }, { "english": "It was Zaire by then in One thousand nine hundred seventy-six.", "luganda": "Yali Zaire mu kaseera ako mu lukumi mu lwenda nsanvu mu mukaaga." }, { "english": "Zimbabwe made the mistake in the first nine months of two thousand nineteen.", "luganda": "Zimbabwe yakola ensobi mu myezi egisooka omwenda mu nkumi bbiri kkumi na mwenda." }, { "english": "Kaggwa served many roles in human rights advocacy.", "luganda": "Kaggwa yaweereza mu bifo bingi mu kuwolereza eddembe ly'obuntu." }, { "english": "Kaggwa had a marked record as a politician.", "luganda": "Kaggwa yalina likodi emanyikiddwa nga munnabyabufuzi." }, { "english": "Kaggwa served the Legislative Assembly from two thousand one to two thousand six.", "luganda": "Kaggwa yaweereza akakiiko akakozi k'amateeka okuva mu nkumi bbiri mu gumu okutuuka ku nkumi bbiri mu mukaaga." }, { "english": "Kaggwa answered questions on Uganda's deteriorating human rights record.", "luganda": "Kaggwa yaddamu ebibuuzo ku kusebengera kwa likodi y'eddembe ly'obuntu mu Uganda." }, { "english": "Nalufenya police station in Jinja rose to infamy as a torture center.", "luganda": "Poliisi sitenseni ya Nalufenya e Jinja yamanyikibwa mu bubi nga ekifo eky'okutulugunyizibwamu." }, { "english": "He participated in the new legislation that places individuals' responsibility on a police officer.", "luganda": "Yeetaba mu nteekateeka y'okukola etteeka eppya eriteeka obuvunaanyizibwa bw'omuntu ssekinnoomu ku mukungu wa poliisi." }, { "english": "He worked until one thousand eighty-one.", "luganda": "Yakola okutuusa mu lukumi kinaana mu gumu." }, { "english": "Leonardo is the artist who created the Mona Lisa.", "luganda": "Leonardo ye musiizi w'ebifaananyi eyatondawo Mona Lisa." }, { "english": "He innovated the flying machines and concentrated solar power that we enjoy today.", "luganda": "Yayiiya ebyuma ebibuuka n'amasanyalaze g'amanyi g'enjuba agawumbiddwa awamu ge tuli mu kunyumirwa leero." }, { "english": "In the painting she crosses her hands.", "luganda": "Mu kisiige ayisinganya emikono gye." }, { "english": "The rare art will capture the imagination of diverse audiences across the world.", "luganda": "Ebisiige ebitasangika bikwata ebirowoozo by'abantu okwetooloola ensi yonna." }, { "english": "The exhibit provides more than a classical art display.", "luganda": "Omwoleso guwa entimba y'ebifaananyi esinga ku musono gw'edda." }, { "english": "The exhibition will benefit the larger community.", "luganda": "Omwoleso gujja kugasa ekitundu kinene." }, { "english": "The innovations have come to benefit diverse communities globally.", "luganda": "Obuyiiya buzze okugasa ebitundu eby'enjawulo mu nsi yonna." }, { "english": "The insurance company refused payout until he was proven dead.", "luganda": "Kampuni ya yinsuwa yagaana okusasula okutuusa lwe baakakasa nti mufu." }, { "english": "Seaweed water lilies play a big role in biofiltration.", "luganda": "Ekiddo ky'oku mazzi ne kitengejja bikola kya maanyi nnyo mu kusengejja." }, { "english": "He said restoring the quarries enabled the cement firm to help in air purification.", "luganda": "Yagambye nti okuzzaawo ekirombe kisobozesa ekkolero lya sseminti okusengejja empewo." }, { "english": "The two quarries Musando said are open to the public as nature parks.", "luganda": "Musando yagambye nti ebirombe bibiri biggule eri abantu ng'amakolero ag'obutonde." }, { "english": "Over two hundred thousand visitors a year visit Bamburi Haller Park.", "luganda": "Abagenyi abasukka enkumi ebbiri omwaka bakyalira Bamburi Haller Park." }, { "english": "He said East African children aged below twelve are charged three hundred Kenyan shillings.", "luganda": "Yagambye abaana b'Obuvanjuba bwa Afirika abali wansi w'emyaka ekkumi n'ebiri baggyibwako siringi za Kenya bisatu." }, { "english": "The Nairobi Stock Exchange-listed firm fell sharply in twenty-eighteen.", "luganda": "Kampuni ya Nairobi Stock Exchange-listed firm yagwa mangu mu nkumi bbiri mu kkumi na munaana." }, { "english": "Bamburi cement recorded an eighty-three percent drop in tax profit.", "luganda": "Sseminti wa Bambuli yafuna okusalika kw'amagoba ga kinaana mu ssatu ku buli kikumi ku musolo." }, { "english": "Twelve billion in the previous year citing a shrinking market in Kenya.", "luganda": "Obuwumbi kkumi na bubiri omwaka oguwedde bwe bwafiirwa mu misolo olw'okukka kw'a katale mu Kenya." }, { "english": "The firms also blamed profit drop on higher operating costs.", "luganda": "Kampuni era yassa eky'okukka kw'amagoba ku ssente ennyingi kw'ekolera." }, { "english": "An industry analyst told Reuter news agency that cement volumes in Kenya grew by nine percent.", "luganda": "Omutunuulizi w'ebyamakolero yagambye Reuter news agency nti obungi bwa sseminti mu Kenya bwalinya n'ebitundu mwenda ku buli kikumi." }, { "english": "Increased competitive pressure fueled by a growing gap between installed cement grinding capacity.", "luganda": "Okweyongera kw'okuvuganya kwayongera amaanyi mu kugaziya omuwaatwa mu bungi bwa sseminti." }, { "english": "Bamburi Cement's initiative to successfully rehabilitate and conserve biodiversity earned it global recognition.", "luganda": "Ekirowoozo kya Bamburi Cement okuddaabiriza n'okukuuma obutonde kyagimanyisa ensi yonna." }, { "english": "Replicating the same in Kasese Tororo Hima the place Bamburi Cement's subsidiary.", "luganda": "Okuddamu kye kimu e Kasese Tororo Hima ekifo ekirala awakolebwa Bamburi Cement." }, { "english": "The residents cite dust all over the vicinity something similar to that in Mombasa could do them well.", "luganda": "Abatuuze bajulira ku nfuufu mu kitundu ekintu ekyefaanaanyiriza ekiri e Mombasa." }, { "english": "Musando says similar work is going on at Hima though not extensive as in Kenya.", "luganda": "Musando agamba nti omulimu gwe gumu gugenda mu maaso e Hoima wabula nga si munene nga bwe kiri mu Kenya." }, { "english": "He cites differences in laws governing the cement mining processes.", "luganda": "Anokolayo enjawulo mu mateeka agafuga ensima ya sseminti." }, { "english": "He said Hima is doing much better in integrating communities to conserve the environment.", "luganda": "Yagambye nti Hima ekola bulungi nnyo mu kugatta ebitundu okukuuma obutonde." }, { "english": "Hima is doing alternative fuels as the plant runs largely on environmentally friendly fuel.", "luganda": "Hima ekola ebyokufumbisa ebirala nga ekkolero bwe liddukanyizibwa ku bifumbisibwa ebitakosa butonde." }, { "english": "No freebies to the surrounding communities this similar in Uganda.", "luganda": "Tewali kuddizibwa eri ebitundu ebyetoolodde ekyefaanaanyiriza ne mu Uganda." }, { "english": "Instead the firm offers business opportunities to the local communities.", "luganda": "Wabula kampuni ewa abantu b'ekitundu emikisa gya bizinensi." }, { "english": "We buy trees for planting on our land from the neighboring communities.", "luganda": "Tugula emiti egy'okusimba ku ttaka lyaffe okuva mu bitundu ebitulinaanye." }, { "english": "We aim to show them how to work for themselves.", "luganda": "Ekiruubirirwa kyaffe kwe kubalaga engeri y'okwekolerera." }, { "english": "The cement firm also extends free maternal health care to the neighboring communities.", "luganda": "Kkampuni ya sseminti ewa obujjanjabi eri bamaama ab'embuto mu bitundu ebiriraanyeewo." }, { "english": "Rehabilitated vegetation at Bamburi Haller Park.", "luganda": "Omuddo ogwaddaabirizibwa ku Bamburi Haller Park." }, { "english": "Cash Chat mobile application has been unveiled on the Ugandan market.", "luganda": "Cash Chat mobile application yatongozeddwa ku katale ka Uganda." }, { "english": "The Cash Chat Mobile application is powered by Pesamoni", "luganda": "Cash Chat Mobile application eddukanyizibwa Pesamoni." }, { "english": "Over four hundred global users have signed up on the mobile application.", "luganda": "Abakozesa abasukka ebikumi bina okwotooloola ensi beegasse ku apulikesoni y'oku ssimu." }, { "english": "Edgar Ofoyuru is the products Designer at Bold Cashers Limited.", "luganda": "Edgar Ofoyuru ye mukulaakulanya w'ebyamaguzi mu old Cashers Limited" }, { "english": "They spent two years in prison.", "luganda": "Baamala emyaka ebiri mu kkomera." }, { "english": "The application is easy to use once downloaded from Google Play Store.", "luganda": "Apulikesoni nnyangu okukozesa singa ebeera ewanuddwa okuva ku Google Play Store." }, { "english": "All you do is register open and activate your account normally like any other platform.", "luganda": "Ky'olina okukola ggulawo era okozese akawunti yo nga ku mukutu omulala gwonna." }, { "english": "Bold Casher's Limited and developer of the Cash Chat mobile application Asher Namanya Asanasio.", "luganda": "Bold Casher's Limited n'omuzimbi wa Cash Chat mobile application Asher Namanya Asanasio bazze." }, { "english": "Hima Cement has introduced a new cement type called RapidSet", "luganda": "Hima Cement etongozza ekika kya sseminti ekipya ekiyitibwa Rapidset." }, { "english": "Chief Executive Officer Jean Michel said the real estate sector and construction continue to grow.", "luganda": "Ssenkulu Jean Michel yagambye nti ekisaawe ky'okuzimba n'okukulaakulanya ettaka kyeyongera okukula." }, { "english": "On November twenty-second he said this drives our commitment to innovative solutions.", "luganda": "Nga abiri mu bbiri Museenene yagamba kino kitwongeramu obumalirivu mu kuyiiya." }, { "english": "RapidSet is recommended for concrete applications such as culverts pavers bridge beams and others.", "luganda": "RapidSet asembebwa okukola ebintu eby'enkokoto nga ebigoma ppeeva entindo n'ebirala." }, { "english": "It is available in thirty kilograms bags.", "luganda": "Waali mu busawo obwa kkiro asatu." }, { "english": "State Minister for Works Katumba Wamala said Hima will continue to benefit from local content.", "luganda": "Minisita w'emirimu Katumba Wamala yagambye nti Hima ejja kwongera okuganyulwa ku bintu bya kuno." }, { "english": "Hima Cement's production capacity is at one million eight hundred thousand tons per annum.", "luganda": "Hima Cement efulumya ttani akakadde kamu mu emitwalo kinaana buli mwaka." }, { "english": "On November twenty-first the Nile Breweries limited team contributed a hundred crates of beer.", "luganda": "Nga abiri mu lumu Museenene ttiimu ya Nile Breweries limited yawaayo kkuleeti za bbiya kikumi." }, { "english": "The members of Busoga Royal concepts led by David Nsiyona received the contribution.", "luganda": "Bammemba ba Busoga Royal concepts abaakulemberwamu David Nsiyona baafuna obuyambi." }, { "english": "Beyond the coronation anniversary the company pledged to continue supporting the Kingdom's initiatives.", "luganda": "N'oggyeko ebikujjuko by'amatikkira kampuni yeeyamye okwongera okuyamba enteekateeka z'obwakabaka." }, { "english": "Information and Communication Technology companies in Uganda are moving to capture the international market.", "luganda": "Amakampuni g'ebyempuliziganya mu Uganda ziruubirira katale k'ensi yonna." }, { "english": "Albert Mucunguzi the chairperson of the Information and Communication Technology Association of Uganda.", "luganda": "Albert Mucunguzi ye ssentebe wa Information and Communication Technology Association of Uganda." }, { "english": "The Association is doing this through initiatives like the Netherlands Trust Fund four Programme.", "luganda": "Ekitongole kikola kino okuyita mu nteekateeka nga Netherlands Trust Fund four Programme." }, { "english": "The two-day expo also saw Information Communication Technology players pitch their ideas.", "luganda": "Omwoleso ogw'ennaku ebbiri gwalaba nti abaddukanya emikutu gy'ebyempuliziganya bayisaamu ebirowoozo byabwe." }, { "english": "Vicent Bagiire the permanent secretary at the Ministry of Information Communication Technology.", "luganda": "Vicent Bagiire ye muwandiisi ow'enkalakkalira owa minisitule y'ebyempuliziganya ne tekinologiya." }, { "english": "Hima cement launches RapidSet Cement New app.", "luganda": "Hima Cement etongozza app ya RapidSet empya." }, { "english": "Aerolink Uganda has announced that the airline will begin to serve the Mbarara Airfield", "luganda": "Aerolink Uganda erangiridde nti kampuni ejja kutandika okuweereza ku kisaawe ky'ennyonyi eky'e Mbarara." }, { "english": "The carrier will not operate during the rainy seasons in April May and November.", "luganda": "Ekyetissi tekijja kukola mu sizoni y'enkuba mu myezi Ogwokuna Ogwokutaana n'Ogwekkumi n'ogumu." }, { "english": "The airline will combine the stop in Mbarara with their flights to Queen Elizabeth National park.", "luganda": "Kampuni ejja kugatta okuyimirira kwayo mu Mbarara n'engendo zaayo okudda ku Queen Elizabeth National Park." }, { "english": "The new stop will for the first time allow visitors of the Emburara Farm Lodge", "luganda": "Okuyimirira kwayo okupya kujja kukkiriza abagenyi okuva ku Emburara Farm Lodge omulundi ogusooka." }, { "english": "The lodge will provide pick-up and drop-off services.", "luganda": "Loogi ejja kussaawo emmotoka ezitambuza abantu." }, { "english": "Passengers on the flight will also reach lake Mburo National Park with ease.", "luganda": "Abasaabaze ku nnyonyi bajja kutuuka mangu ku Mburo National Park." }, { "english": "This development will put Uganda on par with Kenya and Tanzania.", "luganda": "Enkulaakulana eno ejja kuteeka Uganda ku ddaala limu ne Kenya ne Tanzania." }, { "english": "Aerolink Uganda to connect Mbarara Business construction Aviation experts.", "luganda": "Aerolink Uganda yakugatta abakugu ba Mbarara Business construct Aviation." }, { "english": "General Katumbe Wamala launched the Hima Cement.", "luganda": "Generaali Katumba Wamala yaggulawo sseminti wa Hima." }, { "english": "Centenary Bank General Manager Corporate Communications and Marketing Beatrice Lugalambi rewarded four winners.", "luganda": "Ssenkulu w'ebyempuliziganya mu makampuni mu bbanka ya Centenary era Kitunzi Beatrice Lugalambi yawadde abawanguzi bana ebirabo." }, { "english": "Centenary Bank customers are rewarded for transacting using cente visa and cente agents.", "luganda": "Bakasitoma ba Centenary Bank baweebwa ebirabo olw'okukozesa cente visa ne centre agents." }, { "english": "This was on November twenty-sixth at Capital Shoppers in Nakawa.", "luganda": "Kino kyaliwo nga abiri mukaaga Ogwekkumi n'ogumu ku Capital Shoppers e Nakawa." }, { "english": "Uganda Broadcasting Deputy Managing Director Maurice Mugisha and others display coupons for winners.", "luganda": "Omumyuka w'omukulembeze wa Uganda Broadcast Maurice Mugisha n'abalala bagabira abawanguzi obukonge." }, { "english": "Alfred Ochwo the United Nations Development Programme Uganda Resident Representative.", "luganda": "Alfred Ochwo ye mutuuze akiikirira abantu ba Uganda mu United Nations Development Programme" }, { "english": "Twenty-one which will be implemented over three years.", "luganda": "Kijja kuteekebwa mu nkola oluvannyuma lw'emyaka esatu." }, { "english": "The Independent Chinese mobile phone maker Transsion has unveiled its latest smartphone.", "luganda": "The Independent Chinese mobile phone maker Transsion etongozza essimu yaayo eya sseereza empya." }, { "english": "The device priced at five hundred ninety-nine thousand shillings has thirty-two Megapixels.", "luganda": "Eno ya siringi emitwalo ana mu mwenda erina Megapikiso asatu mu bbiri." }, { "english": "Gladys Liu the Marketing Manager in Uganda said the launch of Infinix Samsung five.", "luganda": "Gladys Liu akulira bakitunzi mu Uganda yagambye bali mu kutongoza Infinix Samsung five." }, { "english": "At Infinix we are committed to bringing the latest technologies to young consumers.", "luganda": "Ku Infinix tuli bamalirivu okuleeta tekinologiya omupya eri abakozesa abapya." }, { "english": "Infinix Samsung five is powered by Media Tek Helio Patch twenty-two.", "luganda": "Infinix Samsung five ekutuusibwako Media Tek Helio Patch twenty-two." }, { "english": "This development comes two months since the mobile maker listed its shares", "luganda": "Enkulaakulana eno ezze emyezi ebiri oluvannyuma lw'abakozi b'amasimu lwe yafulumya emigabo gyayo." }, { "english": "In addition to infinix Transsion has succeeded in positioning its two other brands.", "luganda": "Okwongerezaako ku Infinix Transsion esobodde okussaawo ebyamaguzi byayo ebirala bibiri." }, { "english": "The firm's three mobile phone brands were mid this year featured.", "luganda": "Amasimu ga kkampuni asatu amapya gaakolebwa mu mwaka guno." }, { "english": "Tecno itel and infinix ranked fifth seventeenth and twenty-sixth respectively.", "luganda": "Tecno itel ne infinix ziri mu kifo kyakutaano kyamusanvu n'ekyabiri mu omukaaga nga bwe bisengekeddwa." }, { "english": "The Ebola outbreak in the Democratic Republic of Congo has spread since August twenty-eighteen.", "luganda": "Okubalukawo kwa Ebola mu Democratic Republic of Congo kusaasaanye okuva mu August wa nkumi bbiri mu kkumi na munaana." }, { "english": "Some cases linked to people from the Democratic Republic of Congo have been recorded in Uganda.", "luganda": "Abalwadde abamu abalina akakwate ku Democratic Republic of Congo babaliddwa mu Uganda." }, { "english": "To treat Ebola patients and suspected cases doctors typically isolate them in rooms.", "luganda": "Okujjanjaba abalwadde ba Ebola n'abateeberezebwa abasawo babaawulirako mu bisenge." }, { "english": "The Personal Protective Equipment is heavy and hot.", "luganda": "Ebintu ebikozesebwa okwetangira bizito byokya era bitaataaganya." }, { "english": "Doctors and nurses only wear it for thirty minutes and then wash it.", "luganda": "Badokita n'abasawo bazambalira eddakiika asatu zokka ne bazooza." }, { "english": "That means health workers cannot spend adequate time with patients.", "luganda": "Kino kitegeeza nti abajjanjabi tebamala budde bumala n'abalwadde." }, { "english": "Doctor Richard Kojan is an intensive care specialist for the French non-governmental organization Alima", "luganda": "Dokita Richard Kojan mukugu akola mu kasenge ak'abayi ku kitongole kya Bufalansa eky'obwannakyewa ekya Alima" }, { "english": "As a result of limestone mining the East African market environment is degraded.", "luganda": "Oluvannyuma lw'okusima limestone embeera y'obutonde mu East Afirika eyonoonese." }, { "english": "The communities around the factory had a good share of social and economic problems.", "luganda": "Ebitundu ebyetoolodde ekkolero by'alina obuzibu bunene mu bintu ebibagattira awamu ne mu byenfuna." }, { "english": "The firm has been in operation for more than two decades in Hima.", "luganda": "Ekkolero libadde likola okumala emyaka egisukka mu abiri mu Hima." }, { "english": "David Gumisiriza said in reference to Bambrui's environmental initiatives in Kenya", "luganda": "David Gumisiriza yayogedde kino ng'ajuliza ku nteekateeka z'obutonde eza Bambrui mu Kenya." }, { "english": "Bamburi Cement has built diverse ecosystems of forests grasslands and wetland habitats.", "luganda": "Bamburi Cement ezimbye obulamu bw'ebibeera mu bibira ensiko n'entobazi." }, { "english": "Bamburi cement had to cut prices to boost market share.", "luganda": "Bumburi Cement yalina okusala ku miwendo okutumbula akatale." }, { "english": "Bamburi said the shrinking market has played a key role in the market dynamics.", "luganda": "Bamburi yagambye nti okukka mu katale kukoze kinene mu kukyukakyuka kw'akatale." }, { "english": "Hima cement factory is located in a state where Bamburi was many years ago.", "luganda": "Ekkolero lya Hima cement liri mu mbeera Bamburi mwe yali emyaka mingi emabega." }, { "english": "In Uganda government gives a share of its tourism revenues to neighboring communities.", "luganda": "Mu Uganda gavumenti ewa ebitundu ebyetooloddewo ku ssente z'eggya mu byobulamuzi." }, { "english": "The cement firm helped set up a cancer center run by the Coastal General Hospital.", "luganda": "Ekkolero lya sseminti lyayamba mu kuteekawo eddwaliro lya kookolo ku Coastal General Hospital." }, { "english": "The birthday and Coronation anniversary celebrations of Busoga's Kyabazinga William Gabula Nadiope the fourth.", "luganda": "Okujaguza amazaalibwa n'amatikkira ga Kyabazinga wa Busoga William Gabula Nadiope owookuna." }, { "english": "He revealed that the first Swarm Summit and Tech Expo on November twenty-second twenty nineteen.", "luganda": "Yalangiridde nti okwolesa okusooka okwa Swarm Summit ne Tec Exp byakubeerawo mu nkumi bbiri kkumi na mwenda ogwekkumi n'ogumu nga abiri mu bbiri." }, { "english": "Breweries aid Busoga's Kyabazinga Information Technology companies to eye the international market.", "luganda": "Abasogozi bayambako amakampuni ga Kyabazinga aga tekinologiya okufuna akatale k'ensi yonna." }, { "english": "Using Mbarara bypass highway to get on the fast track to park and lodges.", "luganda": "Okuyita ku luguudo lwa mwasanjala olwa Mbarara okutuuka ebirukululana we bisimba." }, { "english": "Elsie Attafuah launched United Nations Development Programme Accelerator Lab Uganda worth eight billion shillings.", "luganda": "Elsie Attafuah yatongozza ekkeberero lya United Nations Development Programme Accelerator Lab Uganda eribalirirwamu obuwumbi bwa siringi kkumi." }, { "english": "It is part of the sixty accelerator labs globally.", "luganda": "Eri emu ku zi accelerator lab enkaaga mu nsi yonna." }, { "english": "Infinix Samsung five is to tap into the fastest Ugandan growing market segment.", "luganda": "Infinix Samsung five ya kwettanirwa nnyo ku katale ka Uganda akakulira ku misinde egya waggulu." }, { "english": "Samsung five is a great manifesto of the brand purpose and mission of the Samsung series.", "luganda": "Samsung five nteekateeka nnene mu biruubirirwa n'ebintu ebikolebwa Samsung." }, { "english": "The mobile maker listed its shares on Shanghai Stock Exchange China last October.", "luganda": "Kampuni y'essimu yakendeezezza emigabo gyayo ku katale k'emigabo aka China omwaka oguwedde." }, { "english": "Tecno and Itel for the African market.", "luganda": "Tecno ne Itel zettanirwa mu Afirika." }, { "english": "The Top hundred most admired Brands in Africa list compiled by Africa Business Magazine.", "luganda": "Olukalala lw'ebika by'amasimu ekikumi ebisinga okwegombebwa mu Afirika lwafulumiziddwa Afirika Business Magazine." }, { "english": "Ebola-infected more than two thousand people killing at least one thousand five hundred.", "luganda": "Ebola yakwata abantu abasukka nkumi bbiri n'attako ekitono lukumi mu bitaano." }, { "english": "The firm has been in operation in Kasese in the South Western part of Uganda.", "luganda": "Ekkolero libadde likola mu Kaseese." }, { "english": "The corpse was dropped off at an old mutual office.", "luganda": "Omulambo gwatwaliddwa ku woofiisi enkadde." }, { "english": "The I-virgin product is controversial.", "luganda": "Ebintu bya I-virgin bizibuzibu." }, { "english": "The user has to insert a pill in the vagina for a couple of hours", "luganda": "Omukozesa alina okussa empeke mu bukyala okumala essaawa eziwera." }, { "english": "The producer asserts that high-quality blood dissolves.", "luganda": "Omukozi agamba nti ovaamu omusaayi mungi." }, { "english": "In some cultures a virginity check is a life or death situation.", "luganda": "Mu buwangwa obumu okukebera embeerera mbeera ya kufa na kuwona." }, { "english": "The family pays compensation if the bride fails the test.", "luganda": "Famire eriwa singa omugole omukyala agwa ekigezo." }, { "english": "There are other products available on the market.", "luganda": "Waliwo ebyamaguzi ebirala ebiri ku katale." }, { "english": "Virginity faking capsules are available on the market.", "luganda": "Empeke ezizzaako embeerera kweziri ku katale." }, { "english": "The wedding day is special and people want to make it an awesome day.", "luganda": "Olunaku lw'embaga lwa ssanyu nnyo era abantu baagala balufuule olunaku olunyuvu." }, { "english": "A Ghanian couple did a wonderous thing on their wedding day.", "luganda": "Abaagalana Abannaggana baakoze ekintu ekirungi ku mbaga yaabwe." }, { "english": "The identities of the couple were unknown.", "luganda": "Ebikwata ku baagalana tebimanyiddwa." }, { "english": "People cheered up for the bride as she arrived in a white coffin.", "luganda": "Abantu baakubira omugole omukyala emizira bwe yatuukira mu ssanduuko enjeru." }, { "english": "The friends opened up the coffin and the bride was happy and posing.", "luganda": "Emikwano gyaggula essanduuko ng'omugole omukyala mwali musanyufu ateredde." }, { "english": "The creativity left people wondering and confused.", "luganda": "Obuyiiya buno bwaleka abantu nga beewuunya era nga batabuddwa." }, { "english": "People compared it to the Undertakers' entry into the world of wrestling entertainment.", "luganda": "Abantu baakigeraageranyizza ku nnyingira ya Undertaker mu muzannyo gw'ekigwo ekizungu." }, { "english": "Some people referred to it as something frightening and stupid.", "luganda": "Abantu bamu baakitutte ng'ekintu ekyesisiwaza era eky'ekisiru." }, { "english": "The family took the man's corpse to the insurance company.", "luganda": "Amaka gaatutte omulambo gw'omusajja ku kampuni ya yinsuwa." }, { "english": "A four thousand three hundred bill has been tabled.", "luganda": "Ebbanja lya ddoola enkumi nnya mu bisatu lyetaagibwa." }, { "english": "It can float like a boat or rise above the waves using hydraulic pilings.", "luganda": "Esobola okutengejja ng'eryato oba waggulu w'amayengo ng'ekozesa hydraulic pilings." }, { "english": "It costs five and a half million dollars with four bedrooms a living room and a kitchen.", "luganda": "Egula obukadde bwa ddoola butaano n'ekitundu n'ebisenge ebisulwamu bina eddiiro n'effumbiro." }, { "english": "The mansion is the ultimate luxury.", "luganda": "Kalina ya kwejalabya ekyenkomeredde." }, { "english": "Mazda three was the women's world car award in two thousand nineteen.", "luganda": "Mazda eyokusatu kye kyali ekirabo ky'emmotoka y'abakyala mu nsi yonna mu nkumi bbiri kkumi na mwenda." }, { "english": "The jury represents over thirty countries.", "luganda": "Omusazi w'empaka akiikirira ensi ezisoba mu asatu." }, { "english": "The factors considered included aesthetic appearance practicality safety environmental footprint and value for money.", "luganda": "Ensonga ezifiibwako mulimu obulungi amaanyi obw'erinde obutonde n'omuwendo gwa ssente." }, { "english": "The big winner was announced at the Dubai international motor show in two thousand nineteen.", "luganda": "Omuwanguzi omukulu yalangirirwa ku kivvulu kya Dubai international motor show mu nkumi bbiri kkumi na mwenda." }, { "english": "Automakers say that the three are based on designing the car around the human being.", "luganda": "Abakozi b'emmotoka bagamba nti ebisatu byesigamizibwa ku kuwunda emmotoka okusinziira ku muntu." }, { "english": "Mazda has made advancements in the refinement and technological levels.", "luganda": "Mazda ekoze ennongoozeseza mu mutindo ne mu tekinologiya." }, { "english": "Driving attributes have been enhanced to make acceleration turning and braking completely natural.", "luganda": "Ebisaanyizo by'okuvuga bikoleddwa okutambuza okuweta n'okusiba obulungi." }, { "english": "Judges were impressed and there was immense praise for the stylish and comfortable vehicle.", "luganda": "Abalamuzi baali basanyufu era baasiima emmotoka ey'omutindo era ennungi." }, { "english": "Accessibility controls space for passengers luggage the design in and out were on point.", "luganda": "Obwangu okuvugibwa ekifo awatuula abasaabaze emigugu empunda munda ne ku ngulu byonna byakolebwa bulungi." }, { "english": "The judges were impressed with the interior comprised of the real quality act.", "luganda": "Abalamuzi baasiima munda omwakolebwa omutindo ogwa nnamaddala." }, { "english": "Equipment as well as the technological levels were quite good.", "luganda": "Ebyakozesebwa wamu n'ekika kya tekinologiya nabyo byali birungi." }, { "english": "It had safety features.", "luganda": "Yalina ebintu ebirungi." }, { "english": "It was a well-balanced and outstanding family car that was simple to drive.", "luganda": "Yali mmotoka y'amaka eyeetengeredde eyeesigika era ennyangu okuvuga." }, { "english": "The car had value for money as people would get much out of the car.", "luganda": "Emmotoka yalina omuwendo gwa ssente kuba abantu baafunanga kingi mu mmotoka." }, { "english": "The competition's voting management leader was Renuka Kirpalani", "luganda": "Akulira akakiiko ak'empaka z'okulonda yali Renuka Kirpalani." }, { "english": "The best structure will adopt based on international market variations and car availability.", "luganda": "Obuzimbe obulugi ejja kusinziira ku nkyukakyuka y'akatale k'ensi yonna n'emmotoka eziriwo." }, { "english": "Judges nominate their bests ten cars from the list.", "luganda": "Abalamuzi baasunsudde emmotoka zaabwe ekkumi ezisinga okuva ku lukalala." }, { "english": "The cars are put into various categories including one for the supreme award.", "luganda": "Emmotoka ziteekebwa mu matuluba ag'enjawulo okuli n'esinga ekirabo ekinene." }, { "english": "The votes are analyzed by an international accounting firm Grant Thorton.", "luganda": "Obululu bwekenneenyezebwa kkampuni embalirizi ey'ensi yonna eyitibwa Grant Thorton." }, { "english": "Finalists for the supreme award included Audi e-Tron BMW three series Citroen Cfive Aircross.", "luganda": "Abali ku kirabo eky'akamalirizo kuliko Audi e-Tron BMW three series Citroen Cfive Aircross." }, { "english": "Two Thousand nineteen category winners include KIA Mazda KIA Soul EV BMW eight series.", "luganda": "Ekibinja ky'abawanguzi ba nkumi bbiri mu kkumi na mwenda mulimu KIA Mazda KIA Soul EV BMW eight series." }, { "english": "The value of pluralism involves recognizing that different cultures see nature in different ways.", "luganda": "Okukkaanya kuzingiramu okukkiriza nti obuwangwa obw'enjawulo bulaba ebintu mu ngeri ez'enjawulo." }, { "english": "Two thousand nineteen had wild bush fires which destroyed homes and displaced people.", "luganda": "Nkumi bbiri mu kkumi na mwenda gwalimu omuliro ogwasaanyaawo amaka n'okusengula abantu." }, { "english": "Wild bush fires in Brazil have made people realize the importance of nature.", "luganda": "Omuliro mu Brazil gusobozesezza abantu okumanya obulungi bw'obutonde." }, { "english": "A sustainable future can only be realized if people understand the value of pluralism.", "luganda": "Ebiseera by'omu maaso ebirungi bisobola kutuukibwako singa abantu bategeera obulungi bw'okukkaanya." }, { "english": "The assessment report was not in favor of the boss.", "luganda": "Alipoota ekwata ku ntambuza y'emirimu teyabadde nnungi eri omukulu." }, { "english": "There have to be the best uses of natural resources.", "luganda": "Tulina okukozesa obulungi obutonde bw'ensi." }, { "english": "The world's leading scientists met in Vitoria-Gasteiz Basque country in two thousand twelve.", "luganda": "Bannassaayansi abasinga mu nsi ababiri baasisinkana mu Vitoria-Gasteiz mu nsi y'e Basque mu nkumi bbiri mu kkumi n'ebiri." }, { "english": "The values assessment will provide findings on how diverse communities value nature differently.", "luganda": "Okunoonyereza ku miwendo kujja kutuwa ebizuulibwa ku ngeri ebitundu eby'enjawulo gye bikwatamu obuwangwa mu ngeri ez'enjawulo." }, { "english": "The burning tropical forests accounted for the disproportionate share of the world's diversity.", "luganda": "Okwokya ebibira kwaviiriddeko okutaataaganya mu butonde obw'enjawulo." }, { "english": "People should protect and conserve natural treasures for their own sake.", "luganda": "Abantu balina okukuuma n'okutaasa obutonde ku lw'obulungi bwabwe." }, { "english": "Economic forces predominate whereby there are shifts to economic opportunities.", "luganda": "Empagi mu by'ensimbi ezeesigamibwako zireetawo enkyukakyuka mu by'ensimbi." }, { "english": "Politicians and commercial agents see forests as obstacles to agriculture and mining.", "luganda": "Ab'ebyobufuzi ne ba agenti b'ebyensimbi balaba ebibira nga ebiremesa eby'obulimi n'obulunzi awamu n'okuyikula eby'obugagga by'omuttaka." }, { "english": "Politicians make political decisions regarding forests without accounting for what the forests provide.", "luganda": "Bannabyabufuzi bakola okusalawo mu byobufuzi okukwata ku bibira awatali kufaayo ku ki ebibira kye bituwa." }, { "english": "Forests regulate the climate trap greenhouse gases and mitigate the effects of global warming.", "luganda": "Ebibira biyamba ku butonde okukwata omukka oguva mu bbanga wamu n'okukendeeza ku bungi bw'omukka oguli mu bwengula." }, { "english": "Forests act as global water pumps that deliver rain to distant regions.", "luganda": "Ebibira bikola nga ebikubi by'amazzi eby'ensi ebisindika enkuba mu bitundu ebyesudde." }, { "english": "Most policy decisions ignore the contribution of natural resources to people.", "luganda": "Okusalawo kw'amateeka okusinga tekufa ku ngeri obutonde gye buyambyemu abantu." }, { "english": "Policy decisions neglect the needs of people who depend on forests for livelihoods and welfare.", "luganda": "Okusalawo kw'amateeka okusinga tekufa ku byetaago by'abantu ababeerawo olw'ebibira n'obulungi bwabwe." }, { "english": "People value nature because of its contribution to society worldwide.", "luganda": "Abantu bassa ekitiibwa mu butonde olw'ebirungi byabwo eri ebitundu okwetooloola ensi yonna." }, { "english": "Sometimes nature is a source of conflict to society.", "luganda": "Ebiseera ebimu obutonde buvaako obukuubagano mu kitundu." }, { "english": "Politics affects people's access to different resources and how nature is conserved.", "luganda": "Ebyobufuzi bikosa engeri abantu gye bafunamu ebintu eby'enjawulo n'engeri obutonde gye bukuumibwamu." }, { "english": "Governments and private entities make programs that do not take into account forest-dwelling people.", "luganda": "Gavumenti n'ebitongole eby'obwannannyini bikola enteekateeka ezitakwata ku bantu abasaanyawo ebibira." }, { "english": "Policymakers encourage large-scale agriculture to meet global demands in the market.", "luganda": "Abakozi b'amateeka bakubiriza abalimi abalimira awanene okutuukiriza ebyetaago by'akatale k'ensi yonna." }, { "english": "Large plantations encroach on people's homes and are habitants to dangerous animals like primates.", "luganda": "Ennimiro ennene zitwaliramu amaka g'abantu era zibeeramu ebisolo eby'obulabe nga primates." }, { "english": "People have different perceptions regarding nature and it's not obvious to some people.", "luganda": "Abantu balina entegeera ez'enjawulo ku butonde era si kya bulijjo ku bantu abamu." }, { "english": "Politicians should focus more on human values when making decisions about natural systems.", "luganda": "Bannabyabufuzi essira balina kuliteeka ku bintu ebiganyula abantu nga bakola okusalawo ku butonde." }, { "english": "Forest fires have undermined the people depending on them in recent times.", "luganda": "Omuliro ogusaanyaawo ebibira gulemesezza abantu okubyesigamako ebiseera ebiyise." }, { "english": "Governments have a broader perspective on how to preserve and conserve nature.", "luganda": "Gavumenti erina endaba engazi ku ngeri y'okukuumamu n'okutaasa obutonde." }, { "english": "Values assessment is a basis for decision-making towards nature.", "luganda": "Okupima obulungi bw'ekintu kusinziira ku bisalibwawo eri obutonde." }, { "english": "Patricia Balvanera is a professor at the institute for ecosystem and sustainability research.", "luganda": "Patricia Balvanera pulofeesa ku institute for ecosystem and sustainability research." }, { "english": "Unai Pascual is a professor at the Basque center for climate change in Spain.", "luganda": "Unai Pascual pulofeesa ku Basque centre for climate change mu Spain." }, { "english": "Mike Christie is a director of research.", "luganda": "Mike Christie y'akulemberamu okunoonyereza." }, { "english": "Brigitte Baptiste is a chancellor at the Universidad Ean in Bogota", "luganda": "Brigitte Baptiste ye ssenkulu ku Universidad Ean mu Bogota" }, { "english": "Am a lieutenant and have never been a general.", "luganda": "Ndi lotoonanti era sibeerangako generaali." }, { "english": "The inspector general of government is called Irene Mulyagonja.", "luganda": "Kaliisoliiso wa gavumenti ayitibwa Irene Mulyagonja." }, { "english": "The Uganda revenue authority commissioner general is called Doris Akol.", "luganda": "Akulira Uganda revenue authority ye Doris Akol." }, { "english": "President Yoweri Museveni led the anti-corruption walk in Kampala.", "luganda": "Pulezidenti Yoweri Museveni yakulembeddemu okutambula k'okulwanyisa enguzi." }, { "english": "The walk brought together different government agencies religious traditional citizens and civil society leaders.", "luganda": "Okutambula kwagasse wamu ebitongole bya gavumenti enzikiriza obuwangwa abatuuze n'abakulembeze b'ebitundu." }, { "english": "Vice president Edward Kiwanuka Sekandi attended the tenth graduation ceremony of Saint Lawrence University.", "luganda": "Omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi yabadde ku matikkira ga ssettendekero wa Saint Lawrence ag'ekkumi." }, { "english": "Katumba attained a cumulative grade point average of four point nine two.", "luganda": "Katumba yafunye omugatte gw'obubonero buna n'obutundutundu mwenda bbiri." }, { "english": "Emmanuel Kato is the vice-chairman coordinator of the Uganda national allied workers union.", "luganda": "Emmanuel Kato y'amyuka omukwanaganya wa Uganda national allied workers union." }, { "english": "Simon Kinobe is the president of the Uganda Law society.", "luganda": "Simon Kinobe ye Pulezidenti wa Uganda Law society." }, { "english": "Kinobe stressed that most people will be left out of the registration process.", "luganda": "Kinobe yakikkaatirizza nti abantu bangi bajja kulekebwa ebweru mu kwewandiisa." }, { "english": "The exercise began on November twenty-first with limited time allocated to it.", "luganda": "Omulimu gwatandika nga abiri mu lumu Ogwekkumi n'ogumu nga kuweereddwa obudde butono." }, { "english": "The electoral commission chairman Justice Simon Byabakama asserted that there were sixteen million voters.", "luganda": "Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama yagambye nti abalonzi baali obukadde kkumi na mukaaga." }, { "english": "People go to nearby parishes if they want to change the polling station.", "luganda": "Abantu bagenda ku bitebe ebibaliraanye bwe baba nga baagala okukyusa ebifo we balondera" }, { "english": "People receive forms to apply after presenting a letter from the local council one.", "luganda": "Abantu bafuna empapula okusaba oluvannyuma lw'okulagayo ebbaluwa eva ewa ssentebe w'ekyalo." }, { "english": "Byabakama appears on radios to explain electoral decisions.", "luganda": "Byabakama agenda ku laadiyo okunnyonnyola ebigobererwa mu kulonda." }, { "english": "The chairman asserted that the law does not allow electronic registration.", "luganda": "Ssentebe yategeezezza nti etteeka terikkiriza kwewandiisiza ku mutimbagano." }, { "english": "Political analysts have criticized the illegal presence of the electoral commission secretary Sam Rwakoojo.", "luganda": "Abekenneenyi b'ebyobufuzi bavumiridde okubaawo mu bukyamu kwa ssaabawandiisi w'akakiiko k'ebyokulonda Sam Rwakoojo." }, { "english": "The cabinet approved the construction of the hydropower station on Murchison falls.", "luganda": "Akakiiko kaayisizza okuzimba kw'ebbibiro ly'amasannyalaze ku biyiriro bya Murchison." }, { "english": "Conservationists and citizens are against the establishment of the hydropower project.", "luganda": "Abakuumi b'obutonde n'abatuuze tebakkaanya na kuzimbibwa kwa bbibiro lya masannyalaze." }, { "english": "The minister of state for tourism is called Godfrey Kiwanda.", "luganda": "Minisita omubeezi ow'ebyobulambuzi ye Godfrey Kiwanda." }, { "english": "The ministry expects to carry out an environmental impact assessment.", "luganda": "Minisitule esuubira okukola okunoonyereza ku bulungi bw'okukuuma obutonde." }, { "english": "Ugandans started an online petition to save Murchison falls.", "luganda": "Bannayuganda baatandise okujulira okw'oku mutimbagano okutaasa ebiyiriro bya Murchison." }, { "english": "She came out after a divisive election in February two thousand sixteen.", "luganda": "Yajja oluvannyuma lw'akalulu ak'enjawukana mu gwokubiri ogwa nkumi bbiri kkumi na mukaaga." }, { "english": "Ambassador Deborah Malac advocated for the release of the opposition leader Doctor Kizza Besigye.", "luganda": "Omukiise Deborah Mac yasabye okuteebwa kw'omukulembeze w'oludda oluvuganya gavumenti Dokita Kizza Besigye." }, { "english": "Malac criticized the injustices involved in the elections.", "luganda": "Malac yavumiridde obutali bwenkanya mu kulonda." }, { "english": "She criticized voter intimidation the arrest of opposition politicians and the violence involved.", "luganda": "Yavumiridde okutiisatiisa abalonzi okukwata bannabyabufuzi abavuganya gavumenti n'obutabanguko obwabaddemu." }, { "english": "The company agreed to compensate the people.", "luganda": "Kampuni yakkirizza okuliyirira abantu." }, { "english": "The product consists of small capsules.", "luganda": "Ekyamaguzi kirimu obuweke obutono." }, { "english": "The pill has to be inserted for the planned intercourse to fake virginity.", "luganda": "Empeke teteekeddwa olw'okwegatta okugenderere okulimba obubeererevu." }, { "english": "The dissolution poses no health dangers to the user.", "luganda": "Ekyasaliddwawo tekirina bulabe ku bulamu bwa mukozesa." }, { "english": "The relatives of the groom inspect the bed sheets after the wedding night.", "luganda": "Aboluganda lw'omugole omusajja bakebera amasuuka oluvannyuma lw'ekiro ky'embaga." }, { "english": "The bride has to endure a series of trials.", "luganda": "Omugole alina okugumira okugezesebwa okw'enjawulo." }, { "english": "The German company virginal care sells artificial hymens.", "luganda": "Kkampuni ya German eya Virginal care etunda obububi bw'abakyala." }, { "english": "The bride turned up the venue in the most unconventional way.", "luganda": "Omugole omukyala yatuuse mu kifo mu ngeri esingayo obutaba ya bulijjo." }, { "english": "Twitter user Postsubman posted a video when the couple took a usual entry.", "luganda": "Omukozesa wa twitter Postsubman yataddeyo akatambi nga abagole bayingira mu ngeri eya bulijjo." }, { "english": "Others pointed it out as death do us apart.", "luganda": "Abalala baakinokoddeyo nga okufa bwe kulitwawula." }, { "english": "People can buy virginity pills to fake on the wedding night.", "luganda": "Abantu bagula eddagala okufera embeerera ku kiro ky'embaga." }, { "english": "Hydraulic pilings stabilize it in rough waters.", "luganda": "Empeke za Hydraulic zigitebenkeza mu mazzi amazibu wamu n'okugimazaako category four Hurricane." }, { "english": "It has forty-five bathrooms and a swimming platform.", "luganda": "Erina ebiyigo ana mu bitaano awawugirwa n'olubalaza." }, { "english": "Zimbabwe understates aid by agencies.", "luganda": "Zimbabwe tessa kitiibwa mu buyambi bugiweebwa bitongole." }, { "english": "The jury voted to base on the criteria women use when purchasing a car.", "luganda": "Abasazi b'empaka baasazeewo kusinziira ku ngeri abakazi gye bakolamu nga bagula emmotoka." }, { "english": "Mazda has made fundamental attributes to make the acceleration turning and braking completely natural.", "luganda": "Mazda ekoze kinene okulaba nga okuvuga okuweta n'okusibirawo bibeera byangu." }, { "english": "The voting system was the most egalitarian in its nine-year history.", "luganda": "Okulonda kwe kwasinga okuba okw'obwenkanya mu byafaayo by'emyaka omwenda." }, { "english": "Kirpalani explained that they agreed to a very fair voting formula.", "luganda": "Kirpalani yannyonnyodde nti bakkiriziganyizza ku kulonda okulungi ennyo." }, { "english": "Others include Ford Kuga Hyundai Sonata KIA Xceed Lexus UX Porsche Nine hundred eleven.", "luganda": "Endala mulimu Ford Kuga Hyundai Sonata KIA Xceed Lexus UX Porsche Nine hundred eleven." }, { "english": "Others include Porche nine hundred eleven and Mazda three.", "luganda": "Endala mulimu Porche nine hundred eleven ne Mazda three." }, { "english": "Cultural diversity and universality help in sustainability.", "luganda": "Enjawulo mu buwangwa n'okufaanagana kiyamba ne mu biseera by'omu maaso." }, { "english": "Different communities conserve nature in different ways because of the different values attached to nature.", "luganda": "Ebitundu eby'enjawulo bikuuma obutonde mu ngeri ez'enjawulo olw'emiganyulo emingi egiri ku butonde." }, { "english": "The European green capital is where scientists focused on the diverse values of nature.", "luganda": "European green capital bannassaayansi kwe bassanga essira okukuuma obutonde." }, { "english": "The assessment also looks at how the natural systems benefit us.", "luganda": "Okunoonyereza era kulaze engeri obutonde gye butuganyulamu." }, { "english": "Natural treasures have an immense contribution to people's lives.", "luganda": "Obutonde bulina omuganyulo mungi ku bulamu bw'abantu." }, { "english": "Some of the economic opportunities include timber pharmaceutical companies eco-tourism and mining.", "luganda": "Emikisa gy'ensimbi mulimu embaawo amakampuni g'eddagala obulambuzi n'okusima ebyobugagga." }, { "english": "Policymakers support lower-income farmers who rely on crops for their livelihoods.", "luganda": "Abakola amateeka bayamba abalimi bamufunampola abatambuliza obulamu bwabwe ku birime." }, { "english": "Primates include gorillas orangutans and howler monkeys.", "luganda": "Primates mulimu amazike orangutans ne howler monkeys." }, { "english": "The values assessment helps people understand the art of natural interactions.", "luganda": "Okunoonyereza kuyamba abantu okumanya obulungi bw'okukozesa obutonde." }, { "english": "The institute is found at the national autonomous university of Mexico.", "luganda": "Ettendekero lisangibwa ku ssettendekero wa national autonomous eya Mexico." }, { "english": "He is an associate senior research scientist at the center for development and environment.", "luganda": "Munoonyereza omukugu ku centre for development and environment." }, { "english": "The research is carried out at Aberystwyth university's business school in the United Kingdom.", "luganda": "Okunoonyereza kukolebwa ku Aberystwyth university's business school mu United Kingdom." }, { "english": "Let us leave the issues of the generals to the generals.", "luganda": "Ensonga z'abakulu tuzirekere bakulu." }, { "english": "She explained that the church should be blamed under the anti-money laundering law.", "luganda": "Yannyonnyola nti ekkanisa erina okunenyezebwa wansi w'etteeka ly'okubulankanya ensimbi." }, { "english": "It's within the law to destroy goods that have been levied and don't enter the market", "luganda": "Kiri mu mateeka okwonoona ebyamaguzi ebiggyiddwako omusolo ne bitatuuka ku katale." }, { "english": "This took place on December fourth.", "luganda": "Kino kyaliwo nga nnya Ntenvu." }, { "english": "The walk took place to intensify the fight against corruption.", "luganda": "Okutambula kwabaddeko okulwanyisa obuli bw'enguzi obweyongedde." }, { "english": "He handed over the plaque to Saint Lawrence university's best student Charles Katumba.", "luganda": "Yawadde omuyizi wa ssettendekero lya Saint Lawrence yunivaasite eyasinze Charles Katumba bbaagi." }, { "english": "He addressed the media in a move to enhance the salaries of all public servants.", "luganda": "Yayogeddeko eri bannamawulire n'ekigendererwa ky'okwongeza emisaala gy'abakozi ba gavumenti." }, { "english": "The lawyers body planned to sue the Uganda electoral commission.", "luganda": "Ekibiina kya bannamateeka kyateekateeka okuwabira akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga." }, { "english": "The registration exercise ends on December eleventh after twenty-one days.", "luganda": "Okwewandiisa kukoma nga kkumi na lumu Ogwekkumi n'ebiri oluvannyuma lw'ennaku abiri mu lumu." }, { "english": "The chairman expected the number to increase before the deadline day.", "luganda": "Ssentebe yasuubidde omuwendo okweyongera ku lunaku lwa ssalessale." }, { "english": "The local council one chairperson confirms that you reside in that specific area.", "luganda": "Ssentebe w'ekyalo yakakasizza nti obeere mu kifo ekyo." }, { "english": "These include severe gambling addiction and money laundering", "luganda": "Bino mulimu okuzannya ennyo zzaala okwemanyiiza n'okufuna ssente mu ngeri enkyamu." }, { "english": "Some of these concerns are also experienced in other parts of the world", "luganda": "Ezimu ku nsonga zino zisangibwa ne mu bitundu by'ensi ebirala." }, { "english": "Some youths are now suffering from internet addiction.", "luganda": "Abavubuka abamu babonaabona na kwemalira ku mutimbagano." }, { "english": "Heightened levels of social anxiety and loneliness in the population are a result of addictions.", "luganda": "Emitendera gy'okwekyawa eginokoddwa n'obumu mu bantu buva ku kwemanyiiza." }, { "english": "President Yoweri Museveni ordered that no new licenses can be issued to sports betting companies", "luganda": "Pulezidenti Yoweri Museveni yalagidde nti tewali layisinsi mpya zisobola kuweebwa kampuni ensibi z'obupapula ku byemizannyo." }, { "english": "Museveni also said that permits issued to existing firms will not be renewed when they expire", "luganda": "Museveni era yagambye nti ppamiti ezaaweebwa amakolero agaliwo tezijja kuzzibwa buggya nga ziweddeko." }, { "english": "The sports betting industry's growth has led to addiction among the youth", "luganda": "Enkulaakulana y'amakampuni g'okusiba ku mizannyo eviiriddeko abavubuka okuzeeyunira." }, { "english": "Museveni's action of banning sports betting in Uganda was praised.", "luganda": "Ekikolwa kya Museveni okuwera amakampuni agasiba ku mizannyo kyasiimibwa." }, { "english": "Uganda is in good company.", "luganda": "Uganda eri mu nkolagana nnungi." }, { "english": "Several countries around the world have banned gambling.", "luganda": "Amawanga agawera okwetooloola ensi gaweze okusiba ku mizannyo." }, { "english": "In sub-Saharan Africa several countries have been grappling with similar regulatory challenges.", "luganda": "Mu ttundutundu ly'eddungu Sahara amawanga agawera gabadde gasanga okusoomoozebwa kw'amateeka kwe kumu." }, { "english": "Kenya is the third-largest gambling market in Africa after Nigeria.", "luganda": "Kenya y'ensi eyokusatu esingamu akatale k'okusiba ku mizannyo oluvannyuma lwa Nigeria." }, { "english": "The tax was subsequently reduced to fifteen percent.", "luganda": "Omusolo gwasaliddwa ddala okutuuka ku bitundu kkumi na bitaano ku buli kikumi." }, { "english": "All Muslim majority countries ban gambling on religious grounds.", "luganda": "Amawanga agasingamu abasiraamu gawera okusiba ku mizannyo nga geesigama ku nzikiriza." }, { "english": "The United Arab Emirates Kuwait and Jordan have an official ban except in casinos.", "luganda": "United Arab Emirates Kuwait ne Jordan gaawera mu butongole okuggyako mu bifo awalagibwa emizannyo." }, { "english": "Gambling prohibitions are driven by concerns about money laundering and gambling addiction.", "luganda": "Okuwera okusiba ku mizannyo kuva ku buzibu obuli mu kufuna ssente mu ngeri ezitali mu mateeka n'okwemanyiiza ennyo okusiba ku mizannyo." }, { "english": "Sports betting is the focus of illegal activities such as match-fixing.", "luganda": "Okusiba ku mizannyo kuvaako ebikolwa ebitali mu mateeka nga okutunda emizannyo." }, { "english": "Online gambling is banned in Singapore and Cambodia.", "luganda": "Okusibira emizannyo ku mitimbagano kuwereddwa mu Singapore ne Cambodia." }, { "english": "In Singapore all forms of online betting are illegal unless exemptions are granted.", "luganda": "Mu Singapore engeri zonna ez'okusibira emizannyo ku mitimbagano tezikkirizibwa okuggyako ng'okkiriziddwa." }, { "english": "Albania passed a similar law to Uganda in October two thousand eighteen.", "luganda": "Albania yayisa etteeka erifaanana erya Uganda mu nkumi bbiri kkumi na munaana Ogwekkumi." }, { "english": "Italy is considered to have one of the worst gambling problems in the world", "luganda": "Italy etwalibwa okuba n'ekizibu ekisingayo eky'okusiba ku mizannyo mu nsi." }, { "english": "Italy accounts for twenty-five percent of the world's gamblers", "luganda": "Italy etwala ebitundu abiri mu bitaano ku buli kikumi eky'abasiba ku mizannyo mu nsi." }, { "english": "A sizeable percentage of Italians are classified as gambling addicts", "luganda": "Ettundutundu ly'Abayitale eddene litwalibwa okuba eryatamiira okusiba ku mizannyo." }, { "english": "Smartphone penetration around the continent has exhibited a remarkable growth rate.", "luganda": "Okuggya kw'amasimu ga sseereza okwetooloola ssemazinga kuviiriddeko enkulaakulana erabibwako." }, { "english": "Cameroon had seventy-two percent registered users of social networks.", "luganda": "Cameroon yalina abakozesa emikutu emigattabantu abawandiike ebitundu abiri mu bibiri ku buli kikumi." }, { "english": "Matches are often screened in small viewing centers.", "luganda": "Emizannyo gitera okulagibwa mu bifo we giragibwa ebitonotono." }, { "english": "The most popular social networks for that community was Facebook Instagram and Twitter.", "luganda": "Emikutu emigattabantu egisinga obuganzi mu bantu gye gi Facebook Instagram ne Twitter." }, { "english": "There is growing interest in sports betting among African youth.", "luganda": "Waliwo okweyongera mu kwagala okusiba ku mizannyo mu bavubuka ba Afirika." }, { "english": "Mobile phones are the preferred avenue for sports betting.", "luganda": "Amasimu luwenda olwettanirwa mu kusiba ku mizannyo." }, { "english": "The increasing availability of smartphones is unleashing the innovative potential of sub-Saharan African youth.", "luganda": "Okweyongera kw'amasimu ga sseereza kuviiriddeko okweyongera kw'obuyiiya mu bavubuka b'eddungu Sahara." }, { "english": "Social media platforms have the potential to change lives around the continent", "luganda": "Emikutu emigattabantu girina obusobozi bw'okukyusa obulamu okwetooloola ssemazinga." }, { "english": "Many social media adaptions are the result of the inventiveness of sub-Saharan youth", "luganda": "Okweyunira ennyo emikutu emigattabantu mu bavubuka b'eddungu Sahara kuvudde ku kwewaayo." }, { "english": "The digital satellite television space across the continent broadcasts sports events of African clubs", "luganda": "Terefayina ezisikira ewala okwetooloola ssemazinga ziweereza ebyemizannyo ku ttiimu za Afirika." }, { "english": "Digital Satellite Television has brought foreign league matches to viewing centers", "luganda": "Terefayina ezisikira ewala zireeta emizannyo gy'omu mawanga g'ebweru mu bifo ebirabirwamu." }, { "english": "Viewing centers are in corners of urban centers", "luganda": "Ebifo ebirabirwamu biri mu nkingizi z'ebibuga." }, { "english": "Football fans can keep up with the performance of their teams without ever visiting the club homes", "luganda": "Abawagizi b'omupiira basobola okutumanyisa enkola za ttiimu zaabwe nga tebatuukangako mu maka gaazo." }, { "english": "A third driver is the youth bulge in Africa", "luganda": "Omuvuzi owookusatu gwe musingi mu Afirika." }, { "english": "The continent has the youngest population in the world", "luganda": "Ssemazinga alina omuwendo gw'abantu abasingayo obuto mu nsi." }, { "english": "Most of the African youth are unemployed", "luganda": "Abavubuka abasinga obungi mu Afirika tebalina mirimu." }, { "english": "The impressive advertising of sports betting firms provides an irresistible proposition", "luganda": "Okulangibwa kw'amakampuni agasiba ku by'emizannyo kireetera obutakyewala." }, { "english": "Experts say bickering among government officials could scare away prospective investors", "luganda": "Abakugu bagamba okuyombagana mu bakungu ba gavumenti kiyinza okutiisa bamusigansimbi." }, { "english": "Uganda Telecom needs two hundred fifty-five billion shillings to upgrade its network", "luganda": "Uganda Telecom yeetaaga obuwumbi bibiri ataano mu butaano okuzza obuggya neetiwaaka zaayo." }, { "english": "This would guarantee fast and efficient service delivery to its customers", "luganda": "Kino kyandiyanguya obuweereza obw'amangu era obulungi eri abakozesa baayo." }, { "english": "Twebaze Bemanya saw his contract expire on November twenty-second", "luganda": "Endagaano ya Twebaze Bemanya yaggwako nga abiri mu bbiri Ogwekkumi n'ogumu" }, { "english": "He has been part of the government leadership seeking investors investment in Uganda Telecom", "luganda": "Abadde kitundu ku bukulembeze bwa gavumenti okuperereza bamusigansimbi okusiga ssente mu Uganda Telecom." }, { "english": "Relevant government officials had not appointed a new administrator by November twenty-fifth", "luganda": "Abakungu ba gavumenti ab'omugaso baali tebannalonda bakulembeze bapya nga abiri mu bbiri Ogwekkumi n'ogumu." }, { "english": "Top government officials remained divided on whether or not to appoint a new administrator", "luganda": "Abakungu ba gavumenti ab'oku ntikko baasigadde nga tebakkiriziganyizza ku kulonda oba obutalonda bakulembeze bapya." }, { "english": "Museveni had earlier asked Kahinda Otafiire to search for a new administrator", "luganda": "Museveni yali yasooka kusaba Kahinda Otafiire okunoonya abakulembeze abapya." }, { "english": "Industry experts say the continued fight at the company was not good for business", "luganda": "Abakugu mu by'amakolero bagamba nti okulwanagana okutakoma mu kkolero si kulungi eri bizinensi." }, { "english": "Experts say the energy should be focused on fast resolving the administration issue", "luganda": "Abakugu bagamba amaanyi galina kusooka kuteekebwa ku kutereeza bukulembeze." }, { "english": "Can a new administrator succeed where Bemanya has failed?", "luganda": "Omukulembeze omuggya asobola okuwangula nga Bemanya alemereddwa?" }, { "english": "Kabiito Karamagi said Uganda Telecom will collapse if the government decides not to support it", "luganda": "Kabiito Karamagi yagambye Uganda Telecom ejja kugwa singa gavumenti egezaako obutagiyamba." }, { "english": "Karamagi said it is also surprising that the creditors are silent", "luganda": "Karamagi naye yagambye nti kyewuunyisa nti abalinamu ssente nabo basirise." }, { "english": "Ronald Sebuhinja said government officials must try to resurrect the company", "luganda": "Ronald Sebuhinja yagambye abakungu ba gavumenti balina okugezaako okuyamba ku kampuni." }, { "english": "Changing the administrator does not change the factors that led the company into provisional administration", "luganda": "Okukyusa abakulembeze tekikyusa nsonga zaavaako obuzibu mu bukulembeze bwa kkampuni." }, { "english": "Can Bemanya's removal save or ruin the company?", "luganda": "Okuggyawo Bemanya kisobola okutaasa oba okwongera okubbika kkampuni?" }, { "english": "The long period taken by the administrator to turn around the company's fortunes mean he has failed", "luganda": "Ebbanga eggwanvu eritwalibwa omukulembeze okutuusa kkampuni ku biruubirirwa byayo kitegeeza alemereddwa." }, { "english": "A new administrator may do a good job but we don't know what constraints Bemanya faced", "luganda": "Omukulembeze omupya ayinza okukola omulimu omulungi naye tetumanyi buzibu Bemanya bwe yasanga." }, { "english": "Government should use tax payer's money or raise capital to turn around the telecom firm", "luganda": "Gavumenti erina okukozesa ssente z'omuwiwomusolo oba efune ssente etereeze kkampuni y'amasimu." }, { "english": "There is no guarantee that Uganda Telecom will attract enough customers to keep the business running", "luganda": "Tewali kkatala nti Uganda Telecom ejja kufuna abaguzi abamala okukuuma bizinensi nga egenda mu maaso." }, { "english": "Sebuhinja said the government can get an investor who can try their luck in the company", "luganda": "Sebuhinja yagambye gavumenti esobola okufuna musigansimbi asobola okugezaako omukisa gwe mu kkampuni." }, { "english": "Aeko Ongodia said government officials should avoid fighting over Uganda Telecom management publicly", "luganda": "Aeko Ongodia yagambye abakungu ba gavumenti balina okwewala okulwanira obukulembeze bwa Uganda Telecom mu lujjudde." }, { "english": "He said there is a need for the firm to identify the actual customer needs", "luganda": "Yagambye nti waliwo obwetaavu bwa kkampuni okuzuula ebyetaago by'abaguzi ebituufu." }, { "english": "Uganda's telecom industry is so competitive", "luganda": "Omulimu gwa Uganda Telecom gwa kuvuganya nnyo." }, { "english": "You are very likely to struggle because of the high input cost of infrastructure", "luganda": "Oyolekedde akaseera akazibu olw'omuwendo gw'ensimbi omungi ku bintu ebigasiza abantu awamu." }, { "english": "The first and second position in terms of telecom's market share is nearly cemented", "luganda": "Ekifo ekisooka n'ekyookubiri mu katale ka kkampuni z'amasimu kumpi byatwalibwa dda." }, { "english": "If the government thinks that the company is good for communication it should invest in it.", "luganda": "Gavumenti bw'eba erowooza nti kkampuni nnungi mu by'empuliziganya erina okugisigamu ensimbi." }, { "english": "The strategic reasons for the telecom firm need to be checked with a commercial sensibility", "luganda": "Ensonga enkulu eza kkampuni z'amasimu zirina kwesigama ku kukola nsimbi." }, { "english": "The market had about twenty-three million subscribers according to Uganda Communications Commission data", "luganda": "Akatale kaalina abantu abeegasseeko obukadde abiri mu busatu okusinziira ku bibalo bya Uganda Communications Commission." }, { "english": "The fights at Uganda Telecom have been on and off for some time", "luganda": "Okulwana ku Uganda Telecom kubadde kubaawo ne kuvaawo okumala akabanga." }, { "english": "Bemanya was accused of blocking Anite and Kasaija from accessing the company's financial records", "luganda": "Bemanya yali avunaanibwa okugaana Anite ne Kasajja okufuna ebiwandiiko bya kkampuni eby'ensimbi." }, { "english": "Bemanya had also blocked Anite's side from conducting an audit into the company's affairs", "luganda": "Bemanya era yagaana oludda lwa Anite okukola okubalirira mu bintu bya kkampuni." }, { "english": "William Byaruhanga Bemanya argued that there cannot be an audit when provisional administration", "luganda": "William Byaruhanga Bemanya yagambye nti tewasobola kubaawo kubalirira ku bukulembeze obw'ekiseera." }, { "english": "The ministry of finance has no control over the company in its current status", "luganda": "Minisitule y'ebyensimbi terina lukusa ku mbeera ya kkampuni gy'ebeeramu." }, { "english": "The insolvency act states only listed creditors can apply to the court to remove the administrator", "luganda": "Etteeka ly'okuvunaana ly'ogera ku bantu abalina ssente bokka abanokoddwa nti basobola okusaba mu kkooti okuggyawo obukulembeze." }, { "english": "Anite's side argued that Uganda Telecom is a government entity", "luganda": "Oludda lwa Anite lugamba nti Uganda Telecom kkampuni ya gavumenti." }, { "english": "Museveni was in the know about these fights", "luganda": "Museveni yali amanyi ku kulwanagana kuno." }, { "english": "He said in a letter that Bemanya be replaced with another administrator", "luganda": "Yagambye mu bbaluwa nti Bemanya asikizibwe n'omukulembeze omulala." }, { "english": "The Administrator of Uganda telecom's contract is expiring but you want to renew his contract", "luganda": "Endagaano y'omukulembeza wa Uganda telecom eggwako naye oyagala okuzza obuggya endagaano ye." }, { "english": "Bemanya is always in conflict with Minister Anite.", "luganda": "Bemanya abeera mu kukuubagana ne minisita Anite." }, { "english": "Hon. Anite is one of our most active Baijukuru Museveni's letter reads in part.", "luganda": "\" Hon. Anite y'omu ku bazzukulu abasinga okukola\", ekitundu ku bbaluwa ya Museveni bwe kisoma." }, { "english": "In the interest of cohesion get another Administrator.", "luganda": "Mu kwagala okukolera awamu funa omukulembeze omulala." }, { "english": "It is easier that way.", "luganda": "Kyangu mu ngeri eyo." }, { "english": "Going on with endless tension is not good management.", "luganda": "Okugenda mu maaso n'okutya si kirungi mu bukulembeze." }, { "english": "Kasaija told The Independent that the process to appoint the new administrator had started.", "luganda": "Kasaija yagambye The Independent nti omutendera gw'okulonda omukulembeze omuggya gwali gutandise." }, { "english": "When the time comes we will let you know.", "luganda": "Obudde we bunaatuuka tujja kubategeeza." }, { "english": "Uganda Telecom's troubles started in two thousand seven with big debts.", "luganda": "Ebizibu bya Uganda Telecom byatandika mu nkumi bbiri musanvu n'embalirira ennene." }, { "english": "It started making losses emanating from inadequate investment and competition.", "luganda": "Yatandika okufiirizibwa ekyava mu kusiga ensimbi okutono wamu n'okuvuganya." }, { "english": "The situation worsened when the United Nations imposed sanctions on the Libyan assets.", "luganda": "Embeera yasajjuka United Nation bwe yassa envumbo ku bintu bya Libya." }, { "english": "In two thousand seventeen the Libyan government through a private company Ucom controlled management.", "luganda": "Mu nkumi bbiri mu kkumi na musanvu gavumenti ya Libya ng'eyita mu kkampuni ey'obwannanyini Ucom yatereeza obukulembeze." }, { "english": "Ucom was owned by the Libyan Post Telecommunication and Information Technology Holding Company.", "luganda": "Ucom yali eddukanyizibwa kkampuni y'omu Libya eya Telcommunication and Technology Holding Company." }, { "english": "The government of Uganda owned thirty-one percent shares.", "luganda": "Gavumenti ya Uganda erina emigabo ebitundu asatu ku buli kikumi." }, { "english": "Ucom resumed control of the company two years later following the lifting of international sanctions against Libya.", "luganda": "Ucom yeddiza obuyinza emyaka ebiri mu maaso oluvannyuma lwa Libya okuggyibwako envumbo y'ensi yonna." }, { "english": "This triggered the Libyan authorities to bow out of the Uganda Telecom business.", "luganda": "Kino kyaviirako abobuyinza mu Libya okuggya enta mu bizinensi ya Uganda Telecom." }, { "english": "The company was then placed under provisional administration in May two thousand seventeen.", "luganda": "Kkampuni oluvannyuma yateekebwa wansi w'obukulembeze obw'ekiseera mu nkumi bbiri mu kkumi na musanvu Ogwokutaano." }, { "english": "It remains unclear when this provisional administration will end.", "luganda": "Kisigala nga tekitegeerekeka ddi obukulembeze buno obw'ekiseera lwe bulikoma." }, { "english": "Kenya introduced a thirty-five percent profit tax on gambling operators in the early two thousand eighteen.", "luganda": "Kenya yassa omusolo gwa bitundu asatu mu bitaano ku buli kikumi ku bakola mu zzaala ku ntandikwa ya nkumi bbiri kkumi na munaana." }, { "english": "Exemptions on online betting are rarely issued in Singapore and they come with high minimum requirements.", "luganda": "Abasiba ku mizannyo mu Singapore batera okusonyiyibwa era kiggya n'ebigobererwa bya waggulu nnyo." }, { "english": "Italy accounts for only 2% of the global population.", "luganda": "Yitale ekola abantu ebitundu bibiri ku buli kikumi byokka ku bantu abali mu nsi yonna." }, { "english": "The majority of African youth have insecure jobs.", "luganda": "Abavubuka ba Afirika abasinga balina emirimu egitatebenkedde." }, { "english": "Why can't the government declare the company insolvent?", "luganda": "Lwaki gavumenti tesobola kulangirira nti kkampuni tekyesobola era egidduukirire mu by'ensimbi?" }, { "english": "Any other firm trying to penetrate the telecom market will have to struggle.", "luganda": "Kkampuni endala yonna egezaako okuyingira akatale k'ebyempuliziganya ejja kufuba." }, { "english": "Anite' s side argued the government has all the possible means and power to remove Bemanya.", "luganda": "Oludda lwa Anite lwagambye nti govumenti erina engeri zonna n'obuyinza okuggyawo Bemanya." }, { "english": "The majority of African youth are in casual employment.", "luganda": "Abavubuka ba Afirika abasinga bali mu mirimu egitali gya nkalakkalira." }, { "english": "If the government decides not to support Uganda Telecom Limited it will collapse.", "luganda": "Singa gavumenti esalawo obutayamba Uganda Telecom Limited ejja kusaanawo." }, { "english": "A two hundred hectare experimental park started in nineteen seventy-one.", "luganda": "Ekifo ky'amakolero eky'okugezeserezaamu ekitudde ku yiika bibiri kyatandikibwawo mu lukumi lwenda nsanvu mu gumu." }, { "english": "Rene Haller a Swiss agronomist to rehabilitate the firm's degraded environment", "luganda": "Rene Haller omuswisi munnasaayansi w'ebimera n'ebisolo mu kuddaabulula obwebulungulule obwonooneddwa amakolero." }, { "english": "Bamburi Cement's operation is located ten kilometers from Mombasa.", "luganda": "Okuddukanyizibwa kwa ssementi wa Bamburi kusangibwa kiromita kkumi okuva e Mombasa" }, { "english": "The cement firm's initiative seems to have succeeded with setting up the Park.", "luganda": "Ekirowoozo ky'okutandikawo ekkolero lya sseminti kiyinza okuyitamu n'okutandikawo ekibinja ky'amakolero." }, { "english": "Bamburi cement holds a license that allows them to extract raw material only on land.", "luganda": "Bamburi cement erina olukusa olugikkiriza okusiba ebikozesebwa okukola ebyamaguzi mu ttaka mwokka." }, { "english": "Natural forests are part of the environmental arm.", "luganda": "Ebibira ebitasimbiddwa bantu kitundu ku butonde" }, { "english": "In total the rehabilitated land is three hundred twenty hectares in Mombasa.", "luganda": "Omugatte ettaka eriddaabiriziddwa e Mombaasa liri yiika bisatu mu abiri." }, { "english": "The firm is also in preparation to rehabilitate the land in Katani Machako county.", "luganda": "Kkampuni era eri mu nteekateeka okuddaabiriza ettaka mu Katani mu ssaza ly'e Machako." }, { "english": "The rehabilitation involved landscaping research and communities neighboring the firm's subsidiary in Uganda.", "luganda": "Okuddaabiriza kwazingiramu okupima ettaka okunoonyereza n'ebitundu ebiriraanye amakolero mu Uganda." }, { "english": "Business establishment of pioneer plantations of trees followed by planting of target coastal vegetation.", "luganda": "Okutandikawo bizinensi y'okusimba emiti kyaddirirwa eky'okusimba emiti ku lubalama." }, { "english": "Numerous animal species were introduced to support ecological functions with support from Kenya wildlife.", "luganda": "Ebika by'ebisolo eby'enjawulo bireeteddwa okuyamba ku butonde n'obuvujjirizi okuva mu Kenya wildlife." }, { "english": "Other creatures emerged naturally as a result of the cement firm's support according to Albert Musando.", "luganda": "Okusinziira ku Albert Musando ebitonde ebirala byajja byokka oluvannyuma lw'obuyambi bw'ekkolero lya sseminti." }, { "english": "He cities butterflies that emerged as a result of creating an enabling environment.", "luganda": "Ebiwojjolo mu kibuga byajja olw'okutondawo embeera ebisobozesa." }, { "english": "Doing so means insects like butterflies can feed on flowers or nectar.", "luganda": "Okukola ekyo kitegeeza nti ebiwuka ng'ebiwojjolo bisobola okulya ku bimuli oba omubisi." }, { "english": "We spent our time on it to ensure that we help the ecosystem recover.", "luganda": "Twamala obudde bwaffe ku ekyo okusobola okulaba nga obutonde buddawo." }, { "english": "Musando said the cement firm ensures that in landscaping the environment is suitable.", "luganda": "Musando yagambye nti ekkolero lya sseminti liruubirira okulaba nti kyangu okutereeza obutonde" }, { "english": "In the water ecosystem we create an aquatic habitat that has all sorts of connections.", "luganda": "Mu bulamu bw'amazzi tutonda ebintu ebibeera mu mazzi ebirina obukwatane obwa buli ngeri." }, { "english": "The lizard would be in the water to eat fish.", "luganda": "Omunya gwandibadde mu mazzi okulya ebyennyanja." }, { "english": "The fish take care of reducing the population of mosquitoes by consuming the larvae.", "luganda": "Ekyennyanja kikendeeza omuwendo gw'ensiri nga kirya obusaanyi obuva mu magi." }, { "english": "Without the fish mosquitos will be all over this place.", "luganda": "Awatali byennyanja ensiri zijja kuba zijjudde ekifo kino." }, { "english": "African government spent an estimate of two point two percent of the global military.", "luganda": "Ssemazinga Afirika yasaasaanya ebitundu nga bibiri n'obutundu bubiri ku byokulwanyisa mu nsi yonna." }, { "english": "Kagame officiated a swearing-in ceremony of senior military officials at parliament in Kigali.", "luganda": "Omukolo gwokulayiza abakulu mu magye gwakulirwa Kagame mu lukiiko lw'e ggwanga e kigali mu Rwanda." }, { "english": "The Allied Democratic Forces were to fight the Kampala government President Yoweri Museveni.", "luganda": "Aba Allied Democratic Forces baali bakulwanyisa bukulembeze bwa Museveni e Kampala." }, { "english": "Russia supplies thirty-nine percent of Africa's imported arms.", "luganda": "Ebitundu asatu mu mwenda ku kikumi ku by'okulwanyisa ebiyingizibwa mu Afirika biggibwa Russia" }, { "english": "Direct travels between Rwanda and Burundi ceased.", "luganda": "Entambula zonna wakati wa Rwanda ne Burundi zaakoma" }, { "english": "There are cordial ties among the Rwandan Tutsi and Uganda Hima ethnic groups.", "luganda": "Waliwo enkolagana engundiivu wakati w'Abatuusi okuva e Rwanda n' Abahima ab'e Uganda" }, { "english": "To survive Rwanda must strike first.", "luganda": "Okulusomoka Rwanda eyina okusooka okulumba" }, { "english": "Rwanda's army always seems to be very alert.", "luganda": "Eggye ly'e Rwanda lirabika okuba ku kubw'erinde" }, { "english": "A new East African Corporation president was elected.", "luganda": "Omukulembeze omuggya owa East Afirikan Corporation yalondebwa" }, { "english": "The East African Community made twenty years.", "luganda": "Omukago ogwobuvanjuba bwa Afirika gwawezezza emyaka abiri" }, { "english": "The head of the state summit was suggested.", "luganda": "Omukulembeze w'omukago yalondebwa." }, { "english": "The summit had taken place in Arusha to mark the East African Community's milestone.", "luganda": "Olukungaana lwali lutudde mu Arusha okujjukira omukago gwobuvanjuba bwa Afirika kye gutuuseeko." }, { "english": "The summit was postponed to early next year as an interval of relief to the tension.", "luganda": "Olukungaana lwayongezebwayo okutuusa ku ntandikwa y'omwaka ogujja nga ekikakkanya ku bunkenke." }, { "english": "Rwanda the chair of the East African Community has postponed the summit.", "luganda": "Rwanda nga ssentebe w'olukiiko lw'obuvanjuba bwa Afirika eyongezezzaayo olukungaana." }, { "english": "Rwanda's minister of state wrote a letter to the bloc's secretary-general.", "luganda": "Minisita w'e Rwanda yawandiikira ssaabawandiisi w'omukago ebbaluwa." }, { "english": "Uganda's minister of state informed the independent that the country in question was Tanzania.", "luganda": "Minisita wa Uganda yategeeza nti eggwanga eryali lyogerwako yali Tanzania." }, { "english": "There is a fraught diplomatic relationship between Rwanda and Uganda.", "luganda": "Waliwo obutateeragana wakati wa Rwanda ne Uganda." }, { "english": "The council of ministers is sitting.", "luganda": "Olukiiko lwa ba minisita lutuula." }, { "english": "The resolutions made will be passed onto the summit.", "luganda": "Ebyasalibwawo bijja kuweerezebwa mu lukungaana olunaddako." }, { "english": "The Democratic Republic of Congo has applied to join the East African Community.", "luganda": "Democratic Republic of Congo esabye okwegatta ku mukago gwa East Afirika." }, { "english": "The celebration of twenty years is marked on the calendar.", "luganda": "Okujaguza kw'emyaka abiri kwateekebwa ku kalenda." }, { "english": "It is anticipated if the summit had taken place there would be a bigger pronouncement.", "luganda": "Kisuubirwa nti singa olukungaana lwatuula walibaddewo okulangirira okwomuggundu." }, { "english": "Tanzania said they had a lot to deal with at that moment.", "luganda": "Tanzania yategeeza nga bwe yali erina ensonga nnyingi ze yali ekwasaganya mu kiseera ekyo." }, { "english": "The commemoration of the East African Community's twenty years is a public program.", "luganda": "Okujjukira okuweza emyaka abiri egy'omukago gw'obuvanjuba bwa Afirika nteekateeka ya lukale." }, { "english": "He was the deputy prime minister in charge of East African Affairs.", "luganda": "Ye yali amyuka Ssaabaminisita akwasaganya ensonga za East Afirika." }, { "english": "He was known for his Cancellation of the Heads of States summit.", "luganda": "Yamanyika olw'okusazaamu olukiiko lw'amawanga." }, { "english": "Other scheduled events went as planned.", "luganda": "Enteekateeka endala zonna zaagenda nga bwe zaali zitegekeddwa." }, { "english": "The East African Community was a hive of activity two weeks before the summit.", "luganda": "Kaali kayisanyo mu mukago gw'obuvanjuba bwa Afirika nga ebula wiiki bbiri olukungaana lutuule" }, { "english": "The cancellation of the heads of state summit reflects the bloc's state of affairs.", "luganda": "Okusazibwamu kw'olukungaana olwo kulaga embeera za bannamukago." }, { "english": "They had hoped to publicly build harmony at the occasion.", "luganda": "Baabadde basuubidde okuteekawo obwa sseruganda ku mukolo." }, { "english": "The meeting was postponed by Rwanda.", "luganda": "Rwanda yayongezaayo olukiiko." }, { "english": "Rwanda's minister for the East African Community said some members of their delegation would be unavailable.", "luganda": "Minisita w'e Rwanda ow'omukago gwa East Afirika yategeeza nti abamu ku baweebwa obuvunaanyizibwa ku lwa Rwanda tebajja kubaawo." }, { "english": "Uganda was requested to postpone the meeting to a more convenient date.", "luganda": "Uganda yasabibwa okwongezaayo olutuula okutuuka ku lunaku lwe bawulira nga lujja kubakolera." }, { "english": "The meeting was to follow up on an earlier meeting in Kigali.", "luganda": "Olukiiko lwali lulina kugobererwa olwo olwatuula e Kigali." }, { "english": "These meetings are meant to iron out the issues from the signed pact.", "luganda": "Enkiiko zino zigendererwa kugonjoolwa nsonga eziri mu kiwandiiko ekyateekebwako omukono." }, { "english": "Uganda was adjusting to the developments.", "luganda": "Uganda yali eseesetuka kwebyo ebyali bituukiddwako." }, { "english": "The cost to anyone who destabilized our country is going to be raised.", "luganda": "Omuwendo ogunaasasulibwa ku oyo eyatabangula eggwanga lyaffe gujja kwanjibwa." }, { "english": "The leader said the cost would be very high.", "luganda": "Omukulembeze yategeeza nti ogwo omuwendo gujja kuba gwa waggulu nnyo." }, { "english": "He said he meant his words.", "luganda": "Yagamba nti ebigambo bye yali abitegeeza." }, { "english": "He presided over the swearing-in ceremony for the Rwandan government leaders.", "luganda": "Yakulembeddemu omukolo gw'okulayiza abakulembeze ba gavumenti y'e Rwanda." }, { "english": "Kagame's remarks were a broad sweep.", "luganda": "Ebigambo bya Kagame byali bigazi." }, { "english": "Some commentators said Kagame was partly targeting Victoire Ingabire.", "luganda": "Abakubaganyi b'ebirowoozo abamu baagambye nti ebigambo bya Kagame yali abyolekeza Victoire Ingabire." }, { "english": "Others said he aimed at either Burundi or Uganda.", "luganda": "Abalala baagamba nti yali aluubirira Burundi oba Uganda." }, { "english": "Rwanda accuses Uganda and Burundi of harboring armed rebel militias.", "luganda": "Rwanda erumiriza Uganda ne Burundi okubudamya obubinja obugiyeekera." }, { "english": "Uganda has arrested Rwandans in the country.", "luganda": "Uganda esibye Abanyalwanda abali mu ggwanga." }, { "english": "According to analysts Kagame's tone was a harbinger of doom for the upcoming summit.", "luganda": "Okusinziira ku beekenneenya ensonga Kagame engeri gy'ayogeramu talina ssuubi mu lukungaana olunaddako." }, { "english": "Henry Okello Oryem is Uganda's minister of state for international affairs.", "luganda": "Henry Okello Oryemu ye minisita wa Uganda omubeezi ow'ensonga z'ebweru." }, { "english": "We are very patient.", "luganda": "Tuli bagumiikiriza nnyo." }, { "english": "We are persistent in our position.", "luganda": "Tunyweredde mu kifo kyaffe." }, { "english": "He said that we had nothing wrong.", "luganda": "Yagambye mbu teyabadde na kikyamu kyonna." }, { "english": "We will stick with what was agreed on in Angola.", "luganda": "Tujja kugenda n'ekyakkaanyizibwako mu Angola." }, { "english": "Uganda is willing to do what it takes to end this unfortunate situation.", "luganda": "Uganda nneetegefu okukola kyonna kye kitwala okukomya embeera eno embi." }, { "english": "Oryem says Uganda is willing to give talks another chance irrespective of changes in dates.", "luganda": "Oryemu agamba nti Uganda nneetegefu ku nteesegenya ekiseera kyonna si nsonga oba ennaku z'omwezi zikyukakyuka." }, { "english": "It is a cheaper choice.", "luganda": "Okwo okusalawo kwangu nnyo." }, { "english": "Oryem said the East African Community is on track.", "luganda": "Oryemu yagambye nti omukago gwa East Afirika guli ku mulamwa." }, { "english": "He added that Uganda was determined to keep Rwanda on the negotiating table.", "luganda": "Yayongeddeko nti Uganda yali mmalirivu okukuumira Rwanda mu mbeera z'okuteesa." }, { "english": "The year has generally been tenuous for the East African Community.", "luganda": "Omwaka okutwaliza awamu gubadde muzibu eri omukago ogutaba ensuubulagana y'amawanga g'obuvanjuba bwa Afirika." }, { "english": "There was no robust institutional framework in the East African Community.", "luganda": "Tewabaddeewo nteekateeka ya muggundu mu mukago ogutaba ensuubulagana y'amawanga g'obuvanjuba bwa Afirika" }, { "english": "This allows small misunderstandings to snowball into a much bigger crisis.", "luganda": "Kino kiwa omwagaanya obumulumulu obutonotono okuzimbulukuka ne buvaamu obutategeeragana obw'amaanyi." }, { "english": "Uganda's Ministry of Foreign Affairs delivered a diplomatic protest.", "luganda": "Ekitongole kya Uganda ekikola ku nsonga z'amawanga amalala kyafulumya obutali bumativu bwakyo mu butongole." }, { "english": "There are over ten allegations of smuggling.", "luganda": "Waliwo okukukusa okuteeberezebwa kwa mirundi kkumi." }, { "english": "Uganda protests the murder of its nationals.", "luganda": "Uganda yeemulugunya ku kutemulwa kw'abantu baayo." }, { "english": "Rwanda claims that the two suspected smugglers turned violent.", "luganda": "Rwanda egamba nti ababiri abateeberezebwa okukukusa baafuuka baabulabe." }, { "english": "It has been a back and forth since Rwanda closed its border with Uganda.", "luganda": "Wabaddewo enteeseganya okuva Rwanda lwe yaggala ensalosalo zaayo ne Uganda." }, { "english": "South Sudan failed to form a transitional government of national unity.", "luganda": "South Sudan yalemererwa okussaawo gavumenti ey'ekiseera okugatta abantu." }, { "english": "South Sudan is faced with an ever-looming threat of war breaking out.", "luganda": "South Sudan ebeera ku bunkenke bw'olutalo okubalukawo." }, { "english": "The community cannot afford to have another war in the young country.", "luganda": "Omukago tegusobola kukkiriza kubaawo lutalo lulala mu nsi ekyali ento." }, { "english": "The East African Community was originally formed by Uganda Kenya and Tanzania.", "luganda": "Omukago gwa East Afirika mu ntandikwa gwakolebwa Uganda Kenya ne Tanzania." }, { "english": "There were disagreements between Uganda and Tanzania.", "luganda": "Waaliwo obutategeeragana wakati wa Uganda ne Tanzania." }, { "english": "The East African Community collapsed.", "luganda": "Omukago ogutaba ensuubulagana y'amawanga g'obuvanjuba bwa Afirika gwasasika." }, { "english": "A treaty was signed in November.", "luganda": "Endagaano yassibwako omukono mu Gwekkumi n'ogumu." }, { "english": "Both Burundi and Rwanda joined in two thousand seven", "luganda": "Burundi ne Rwanda bombi baagwegattako mu nkumi bbiri musanvu." }, { "english": "The East African Community has made progressive steps since then.", "luganda": "Omukago gwa East Afirika gutambudde bulungi okuva olwo." }, { "english": "The protocol for the establishment of a common market was signed.", "luganda": "Endagaano etandikawo akatale akaawamu yateekebwako emikono." }, { "english": "A protocol for the establishment of the East Africa Monetary Union was signed.", "luganda": "Endagaano etandikawo ssente ya East Afirika ey'awamu yateekebwako emikono." }, { "english": "Uganda's Ministry of Foreign Affairs delivered a diplomatic protest in November.", "luganda": "Ekitongole kya Uganda ekikola ku nsonga z'amawanga amalala kyafulumya obutali bumativu bwakyo mu butongole mu gwekkumi n'ogumu" }, { "english": "The Confederation of African Football has canceled its media and marketing rights agreement.", "luganda": "Akakiiko akafuga omupiira ku lukalu lwa Afirika kaasazaamu endagaano y'obwakitunzi n'empuliziganya." }, { "english": "The impact has mostly been felt in Africa.", "luganda": "Afirika ye yasinga okukosebwa mu ekyo." }, { "english": "Millions of fans were dismayed as of the first round of the qualifying games.", "luganda": "Obukadde bw'abawagizi bwasoberwa mu kitundu ekisooka eky'emizannyo egiyitawo." }, { "english": "The Africa tournament was held in Egypt.", "luganda": "Empaka za Afirika zaategekebwa mu Egypt." }, { "english": "The Africa Cup of Nations is watched around the world.", "luganda": "Ekikopo kya Afirika eky'amawanga gonna kirabibwa okwetooloola ensi." }, { "english": "Equatorial Guinea and Gabon co-hosted the tournament.", "luganda": "Equatorial Guinea ne Gabon ze zaakyaza empaka z'emizannyo." }, { "english": "The cup is so popular.", "luganda": "Ekikopo kya ttutumu nnyo." }, { "english": "They signed a twelve-year agreement.", "luganda": "Baateeka omukono ku ndagaano ya myaka kkumi n'ebiri." }, { "english": "The commercial value of the African game was upped by the agreement.", "luganda": "Endagaano yalinnyisa omuwendo gwa ssente eziteekebwa mu muzannyo gwa Afirika." }, { "english": "It almost ran into problems.", "luganda": "Katono kigwe mu bizibu." }, { "english": "The contract was anti-competitive according to the Egyptian Competition Authority.", "luganda": "Endagaano yali eremesa okuvuganya ekintu ekitakkirizibwa mu mateeka ga Egypt." }, { "english": "The matter was then taken on by the Economic Court.", "luganda": "Kkooti y'ebyenfuna yayingira mu nsonga." }, { "english": "Egypt's Economic Courts are often staffed by three judges.", "luganda": "Kkooti za Egypt ez'ebyenfuna zitera kuba n'abalamuzi basatu." }, { "english": "The Confederation of African Football did not open the rights to competitive bidding.", "luganda": "Akakiiko akafuga omupiira mu Afirika tekaggulawo kuvuganya." }, { "english": "The deal with Lagardre was deemed unlawful", "luganda": "Entegeeragana gye baatukako yasazibwamu kitegeeza nti yali emenya amateeka." }, { "english": "Senegalese soccer fans watch the Africa Cup of Nations final.", "luganda": "Abawagizi ba Senegal balaba omupiira gw'amawanga ogw'akamalirizo." }, { "english": "The Confederation for African Football was hurt by the cancellation of the agreement.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya omupiira mu Afirika kaakosebwa olw'okusazaamu endagaano eyo." }, { "english": "The federation had no choice but to cancel the deal", "luganda": "Akakiiko tekaalina kya kusalawo kyonna okuggyako okusazaamu endagaano." }, { "english": "Primary broadcasters of the matches lost their rights when the agreement was canceled.", "luganda": "Abaali balina okuweereza emizannyo egyo okuva ku bisaawe baggibwako olukusa oluvannyumma lw'okusazaamu endagaano eyo." }, { "english": "beIN Sports is a global network of sports channels.", "luganda": "Bein sports mukutu gwa byamizannyo ogw'ensi yonna." }, { "english": "This latest blow to the development of African football audiences cannot be understood.", "luganda": "Guno omuziziko ku nkulaakulana y'obuwagizi bw'omupiira gw'ebigere mu Afirika tegutegeerekeka." }, { "english": "The Confederation for African Football was founded long ago.", "luganda": "Olukiiko oluddukanya omupiira mu Afirika lwatandikiibwawo bbanga ddene emabega" }, { "english": "It organizes continent-wide football.", "luganda": "Etegeka omupiira ku ssemazinga yonna." }, { "english": "The confederation was controversial.", "luganda": "Akakiiko kaali ssi keerufu." }, { "english": "The confederation recently made headlines.", "luganda": "Akakiiko jjuuzi kaakola emitwe gy'amawulire." }, { "english": "The Confederation for African Football was under the presidency of Issa Hayatou.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya omupiira mu Afirika kaali wansi w'obukulembeze bwa Issa Hayatou." }, { "english": "He asked why the Confederation for African Football was now singing a different tune.", "luganda": "Yabuuzizza lwaki akakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere mu Afirika kati keekyusizza." }, { "english": "Ahmad defeated Hayatou in an election", "luganda": "Ahmad yakuba Hayatou mu kalulu." }, { "english": "Ahmad was against the deal.", "luganda": "Ahamad yali tawagira ndagaano." }, { "english": "The deal was criticized.", "luganda": "Endagaano yavumirirwa." }, { "english": "The army does not make any errors.", "luganda": "Amagye tegakola nsobi yonna." }, { "english": "The handover will take place in February.", "luganda": "Okuwaayo obuyinza kujja kubaawo mu Gwokubiri." }, { "english": "This was reported in November.", "luganda": "Kino kyanokolwayo mu Gwekkumi n'ogumu" }, { "english": "The summit would be scheduled for the six East African countries.", "luganda": "Waakutegekebwawo olukungaana olw'ensi omukaaga ezikola East Afirika." }, { "english": "There is a growing rift between Uganda and Rwanda and Burundi and Rwanda", "luganda": "Waliwo enjawukana ekula wakati wa Uganda Rwanda ne Burundi." }, { "english": "Tension has built up between the two countries in the last few months.", "luganda": "Obunkenke bweyongedde wakati w'ensi ebbiri mu myezi emitono egyakayita." }, { "english": "Tanzania requested the postponement of the summit.", "luganda": "Tanzania yasaba okwongezebwayo kw'olukungaana." }, { "english": "He did not reveal which head of state asked for the summit to be deferred.", "luganda": "Teyayatuukiriza mukulembeze ki ow'eggwanga eyasaba olukungaana okwongezebwayo." }, { "english": "The council of ministers will deliberate on this fraught diplomatic relationship.", "luganda": "Olukiiko lwa ba Minisita lujja kutuula lukubaganye ebirowoozo ku mbeera etali nnungamu." }, { "english": "Angola and the Democratic Republic of Congo are involved in conflict resolution.", "luganda": "Angola ne Democratic Republic of Congo beenyigidde mu kumalawo obutakkaanya" }, { "english": "The agenda included issues in the community.", "luganda": "Mu bigobererwa mwalimu ensonga ezeekuusa ku kitundu." }, { "english": "They requested a later date.", "luganda": "Baasaba ennaku z'omwezi ez'emabegako." }, { "english": "It has been witnessed through several events.", "luganda": "Kirabiddwako ku mikolo egy'enjawulo." }, { "english": "He was still in office at the time of his death.", "luganda": "Yali akyali mu woofiisi ekiseera mwe yafiira." }, { "english": "This was the anti-climax of the bloc's twentieth anniversary.", "luganda": "Kino kye kyalemesa omukago okujjaguza emyaka amakumi abiri." }, { "english": "The independent visited the East African Community.", "luganda": "Aba Independent baakyalira omukago ogutaba ensuubulagana y'amawanga g'obuvanjuba bwa Afirika." }, { "english": "The meeting was aimed at resolving the stand-off with Uganda.", "luganda": "Olukiiko lwagenderera kugonjoola butakkaanya ne Uganda." }, { "english": "They had other assignments.", "luganda": "Baalina emirimu emirala egyabaweebwa." }, { "english": "The pact was signed by the two nations.", "luganda": "Omukago gwateekebwako emikono amawanga abiri." }, { "english": "A video of Rwanda's president in a foul mood emerged.", "luganda": "Akatambi k'omukulembeze w'e Rwanda nga mwennyamivu kaafuluma." }, { "english": "The remarks sparked varied interpretations.", "luganda": "Waabalukawo endowooza ez'enjawulo." }, { "english": "Victoire Ingabire is an opposition figure in Rwanda.", "luganda": "Victoire Ingabire wa ttutumu ku ludda oluvuganya mu Rwanda." }, { "english": "This is because of the worsening relationship Between them and Kigali.", "luganda": "Kino kiri bwe kityo olw'obutakolagana bwabwe obweyongera wakati waabwe ne Kigali." }, { "english": "The armed rebel militias had an anti-Rwanda mission.", "luganda": "Obubinja bw'abayeekera bwalina ekigendererwa kya kulwanisa Rwanda." }, { "english": "The Rwandese in Uganda have been accused of being security threats.", "luganda": "Abanyalwanda mu Uganda babadde bavunaanibwa okuba ab'obulabe eri ebyokwerinda." }, { "english": "The summit was for the East African Community.", "luganda": "Olukungaana lwali lwa mukago gwa East Afirika." }, { "english": "He said Uganda remains very patient amidst everything.", "luganda": "Yagambye nti Uganda yasigadde ngumiikiriza wakati wa buli kintu." }, { "english": "We are willing to follow the agreement until further notice.", "luganda": "Tuli beetegefu okugoberera endagaano okutuusa nga waliwo ekitegeezeddwa." }, { "english": "Other choices can have a long-term impact.", "luganda": "Okusalawo okulala kusobola okubeera n'obulumi obw'ekiseera ekiwanvu." }, { "english": "Oryem indicated that accommodation is better and we are not resentful.", "luganda": "Oryem yategeeza nti obubudamu kisingako era tetulina mutawaana." }, { "english": "This was meant to maintain an atmosphere that is not toxic and allows progress.", "luganda": "Kino kyali kigendererwamu kukuuma mbeera nga nzikakkamu n'okusobozesa enteeseganya okugenda mu maaso." }, { "english": "This has left it at the mercy of the political mood swings of individual leaders.", "luganda": "Kino kyasigalidde ku kisa ky'abakulembeze b'ebyobufuzi kinnoomu engeri gye bawuliramu." }, { "english": "The East African newspaper advocated for deeper integrations to heal the fissures within.", "luganda": "Olupapula lw'amawulire ga East Afirika lwasaba wabeewo okwegatta okwomunda okusobozesa okuggyawo enjawukana." }, { "english": "It protested the murder of its two citizens.", "luganda": "Yalaga obutali bumativu ku lw'okuttibwa kw'abannansi baayo ababiri." }, { "english": "Uganda's nationals were murdered by Rwanda's security personnel.", "luganda": "Bannayuganda battibwa abakuumaddembe b'e Rwanda." }, { "english": "They assaulted police officers before being shot.", "luganda": "Baalumya abasirikale ba poliisi nga tabannaba kukubibwa masasi." }, { "english": "Rwanda closed its border with Uganda in February.", "luganda": "Rwanda yaggalawo ensalo zaayo ne Uganda mu Gwokubiri." }, { "english": "This has been an indictment on the East African Community and its framework.", "luganda": "Buno bwe bubadde obuzibu ku mukago n'engeri gye gwakolebwamu." }, { "english": "South Sudan therefore remains in a delicate position.", "luganda": "South Sudan nolwensonga eyo esigala mu bw'erinde." }, { "english": "Efforts at mediation have yielded another extension to form a unity government.", "luganda": "Amaanyi ge batadde mu nteesaganya gavuddemu okukola gavumenti ey'ekintabuli." }, { "english": "Uganda was under Idi Amin while Tanzania was under Julius Nyerere.", "luganda": "Uganda yali ekulemberwa Idi Amin ate Tanzania ng'ekulemberwa Julius Nyerere." }, { "english": "It jointly owned institutions like the East African Railways and Harbors headquartered in Dar es Salaam.", "luganda": "Kyalina obuvunaanyizibwa ku bitongole nga East Afirikan Railways ne Haebours headquartered mu Dar es Salaam." }, { "english": "The treaty was signed by President Yoweri Museveni and his counterparts.", "luganda": "Omukago gwateekebwako omukono Pulezidenti Yoweri Museveni ne bakulembeze banne." }, { "english": "South Sudan later joined as well.", "luganda": "Amaserengeta ga Sudan oluvannyuma nabo beegattako." }, { "english": "It signed protocols for establishing the Customs Union.", "luganda": "Bateeka emikono ku ndagaano eziteekawo ensolooza y'omusolo ey'awamu." }, { "english": "It was signed to create a single market across the partner states.", "luganda": "Yateekebwako omukono okutondawo akatale k'awamu mu mawanga ago." }, { "english": "It aimed at creating financial ability across the board.", "luganda": "Kyagendererwamu okuteekawo obusobozi mu byenfuna okwetoolala eggwanga." }, { "english": "It protested the murder of Job Ebyarishanga and Bosco Tuhirwe.", "luganda": "Kyalaze obutali bumativu ku butemu bwa Job Ebyarishanga ne Bosco Tuhirwe." }, { "english": "The governing body for soccer in Africa is the Confederation of African Football.", "luganda": "Ekitongole ekiddukanya omupiira mu Afirika bakiyita Confederation of Afirikan Football." }, { "english": "The impact has been felt across the world.", "luganda": "Ensi yonna ekoseddwa." }, { "english": "The fans learned that the games were blacked out on radio stations.", "luganda": "Abawagizi baakitegeddeko nti emizannyo gyaggiddwa ku mikutu gya leediyo." }, { "english": "The Africa Cup of Nations is widely watched around the continent.", "luganda": "Ekikopo kya Afirika eky'amawanga gonna kirabibwa okwetooloola ensi." }, { "english": "The tournament had six billion viewers.", "luganda": "Empaka zaalina abalabi obuwumbi mukaaga." }, { "english": "The tournament was covered in thirteen languages on television.", "luganda": "Empaka zaawerezebwa ku terefayina mu nnimi kkumi na ssatu." }, { "english": "The agreement was between Lagardre and the Confederation of African Football.", "luganda": "Endagaano yali wakati wa Lagardere n'akakiiko k'omupiira gwa Afirika ogw'ebigere." }, { "english": "The rights were reported to cost about one billion.", "luganda": "Endagaano y'okuweereza emizannyo yali ya kawumbi kamu." }, { "english": "This is because it wasn't based on an open bidding process.", "luganda": "kino kiri bwe kityo kubanga tebasinziira ku kuvuganya" }, { "english": "The Economic court is in Cairo.", "luganda": "Kkooti y'ebyenfuna eri mu Cairo." }, { "english": "The judges are considered specialists in the case.", "luganda": "Abalamuzi batwalibwa okuba nga bakugu mu musango ogwo." }, { "english": "The Confederation for African Football officials were fined.", "luganda": "Abakungu mu kakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere baasabibwa engassi." }, { "english": "The Africa Cup of Nations final on television in a street in Dakar.", "luganda": "Empaka za Afirika ez'akamalirizo ku terefayina ku nguudo mu Dakar." }, { "english": "It was a marketing and rights agreement.", "luganda": "Endagaano yali ya kitunzi n'eddembe." }, { "english": "The broadcasters included SuperSport the South Africa-based Pan-Africa television group.", "luganda": "Abaalaga emipiira mwalimu SuperSport South Afirika-based Pan- Afirika television group" }, { "english": "It has sub-rights to transmit the games in the Americas and the Middle East.", "luganda": "Erina olukusa olugikkiriza okusaasaanya emizannyo mu America ne Middle East." }, { "english": "It is better to consider the issues from the viewpoints of the key parties.", "luganda": "Kisingako n'otunuulira ensonga ng'oli mu ngatto z'enjuyi zombi." }, { "english": "The players of the Confederation for African Football said so.", "luganda": "Abazannyi b'akakiiko akaddukanya omuzannyo gw'omupiira gw'ebigere baagambye batyo." }, { "english": "Its headquarters are in Cairo.", "luganda": "Ekitebe ekikulu kiri mu Cairo." }, { "english": "The confederation hired a high-ranking official.", "luganda": "Akakiiko kaapangisa abakungu abatutumufu." }, { "english": "It strongly argued that the Lagardre contract was not violating Egypt's laws.", "luganda": "Kikakasibwa nti endagaano ya Lagardere yali temenya mateeka ga Egypt." }, { "english": "The federation has a controversial leader.", "luganda": "Akakiiko kalina omukulembeze atali mwerufu." }, { "english": "He made it clear.", "luganda": "Yakikoze nga kitegeerekeka." }, { "english": "It was a long-term commitment.", "luganda": "Yali ndagaano ya kiseera kiwanvu." }, { "english": "It would be the saving grace for a bloc that generally had a bad year politically.", "luganda": "Kyandinunudde omukago ogubadde n'omwaka omubi mu byobufuzi." }, { "english": "The summit is most likely to be overshadowed by this growing rift between the countries.", "luganda": "Omukago gwandibikkibwa enjawukana eziri mu mawanga." }, { "english": "This created unnecessary speculation and mistrust.", "luganda": "Kino kyatondawo obuteesigangana n'okubuusabuusa." }, { "english": "An industrialists and manufacturers' conference was underway.", "luganda": "Olukungaana lwa bannamakolero lugenda mu maaso." }, { "english": "The president warned Rwanda's enemies from within and without.", "luganda": "Omukulembeze yalabudde abalabe b'e Rwanda munda n'ebweru." }, { "english": "He contested against Kagame and remains critical to him.", "luganda": "Yavuganya Kagame era n'asigala ng'amuvumirira." }, { "english": "The Rwandese in Uganda have been accused of having firearms in their possession.", "luganda": "Abanyalwanda abali mu Uganda babadde bavunaanibwa okuba n'ebyokulwanisa." }, { "english": "They were not surprised by the cancellation of the summit.", "luganda": "Tebeewuunya ku kusazibwamu kwa mukago." }, { "english": "The postponement of the meeting might create a sense of exhaustion on Uganda's part.", "luganda": "Okwongezaayo olukiiko kwanditondawo embeera y'okwetamwa eri Bannayuganda." }, { "english": "Job Ebyarishanga and Bosco Tuhirwe were shot by Rwandan security in November.", "luganda": "Job Ebyaruhanga ne Bosco Tuhirwa baakubwa amasasi abasirikale b'e Rwanda mu Gwekkumi n'ogumu" }, { "english": "They were murdered for allegedly smuggling goods across the border.", "luganda": "Battibwa olw'ebigambibwa nti baali bakukusa ebyamaguzi okwetooloola ensalo." }, { "english": "We hope the unity government will be formed by the end of February.", "luganda": "Tusuubira nti gavumenti y'ekintabuli ejja kukolebwa ku nkomerero y'Ogwokubiri." }, { "english": "These led to the collapse of the East African Community.", "luganda": "Bino byaviirako omukago gwa East Afirika okugwa." }, { "english": "Citizens enjoyed the services of the East African Posts and Telecommunications in Kampala.", "luganda": "Abatuuze baaganyulwa mu mpeereza z'ebifo bya East Afirika n'empuliziganya mu Kampala." }, { "english": "The treaty was signed to re-establish the East African Community.", "luganda": "Endagaano yassibwako emikono okusobola okuzzaawo omukago gwa East Afirika." }, { "english": "It was meant to deepen the integration process through liberalization and promotion of trade.", "luganda": "Kyagendererwa kunnyikiza okwegatta nga bayita mu kutumbula ebyensubulagana." }, { "english": "This was done by introducing the free movement of goods persons capital services and capital", "luganda": "Kino kyakolebwa okuteekawo entambula y'ebyamaguzi ey'obwereere entambula y'abantu entandikwa empeereza." }, { "english": "The East African community aimed at having a single currency.", "luganda": "Omukago ow'ensuubulagana ogutaba amawanga g'obuvanjuba wa Afirika gwali guluubirira kuba na ssente ez'awamu." }, { "english": "The agreement was hailed by many as significant when it was signed.", "luganda": "Endagaano bangi baagirabamu omugaso lwe yateekebwako omukono." }, { "english": "The cost was for a year.", "luganda": "Ensasaanya ya mwaka." }, { "english": "They are also designed to rule quickly on commercial cases.", "luganda": "Baazikola okwanguyirizaako mu kusala emisango." }, { "english": "These rights had been bought from Lagardre.", "luganda": "Olukusa baali baalugula okuva ku Lagardere" }, { "english": "It is the only one that has been able to continue to broadcast games.", "luganda": "Ye yokka ebadde n'obusobozi okugenda mu maaso n'okulaga emipiira." }, { "english": "Its operations management was taken over by the International Federation of Football Associations", "luganda": "Enzirukanya y'emirimu gyakyo yatwalibwa akakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere ak'amawanga gonna." }, { "english": "Ahmad Ahmad is the new leader.", "luganda": "Ahmad ye mukulembeze omupya." }, { "english": "The commitment was twelve years long.", "luganda": "Endagaano yali ya buwanvu bwa myaka kkumi n'ebiri." }, { "english": "We should eliminate inefficiencies in the tax collection.", "luganda": "Tulina okuggyamu ebituli mu kusolooza omusolo." }, { "english": "Technology provides employment to the people", "luganda": "Tekinologiya awa abantu emirimu." }, { "english": "African football is getting wide coverage.", "luganda": "Omupiira gw'ebigere gulabwa abantu bangi." }, { "english": "The Confederation of African football will get new bidders.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere kajja kufuna ba musigansimbi abapya." }, { "english": "Lagardere cannot afford to lose the deal.", "luganda": "Lagardere teyinza kukkiriza kufiirwa mulimu." }, { "english": "Lagardere lost its contract with the Asian football confederation.", "luganda": "Lagardere yafiirwa endagaano yaayo n'akakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere aka Asia" }, { "english": "The Confederation of African football has terminated its contract with Lagardere.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere mu Afirika kasazizzaamu endagaano yaako ne Lagerdere." }, { "english": "The Egyptian competition authority role is contested.", "luganda": "Obuvunaanyizibwa bw'akakiiko akalungamya okuvuganya buwakanyizibwa." }, { "english": "Lagardere will not lose the contract easily.", "luganda": "Lagerdere tebajja kufiirwa mangu ndagaano." }, { "english": "The confederation of African football should follow the legal guidelines.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya omupiira mu Afirika kalina okugobererwa okuwabulwa kw'amateeka." }, { "english": "New policies should be established.", "luganda": "Enkola empya zirina okuteekebwawo." }, { "english": "The contract refers to Swiss laws.", "luganda": "Endagaano egoberera amateeka ga Swiss." }, { "english": "The Egyptian authority made the ruling under the Egyptian laws.", "luganda": "Ab'ebyobuyinza ba Egypt baasalawo nga basinziira ku mateeka g'ensi yaabwe." }, { "english": "The confederation of African football obeys Egyptian laws.", "luganda": "Akakiiko akafuga omupiira gwa Afirika kagondera amateeka ga Egypt." }, { "english": "Confederation of African football in Lagardere will limit the damage from contract termination.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere ne Lagardere bajja kukendeeza ku buvune obuva ku kusazaamu endagaano." }, { "english": "Lagardere demands a huge compensation from the Confederation of African football.", "luganda": "Lagardere abanja ssente nnyingi okuliyiribwa okuva mu kakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere mu Afirika." }, { "english": "Confederation of African football has denied its decision being unilateral.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere kagaanye okusalawo kwako okuba nga kugasa oludda lumu." }, { "english": "Confederation of African football and Lagardere want to solve the dispute in two ways.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere ne Lagardere baagala okugonjoola obutakkaanya mu ngeri bbiri." }, { "english": "The dispute can be decided under Swiss legal procedures and guidelines.", "luganda": "Obutakkaanya buyinza okusalibwawo wansi w'amateeka ga Swiss n'ebigobererwa." }, { "english": "Egypt may want to impart its jurisdiction on the Swiss courts.", "luganda": "Egypt eyinza okwagala okukaka amateeka gaayo mu kkooti ya Swiss." }, { "english": "Lagardere should seek compensation.", "luganda": "Lagardere alina okusaba okuyirirwa." }, { "english": "Egyptian competition authority requires the Confederation of African football to make compensation.", "luganda": "Akakiiko akavunaanyizibwa ku kuvuganya kaagala akakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere kaliwe." }, { "english": "Confederation of African football compensation to Lagardere should encourage the re-opening of bidding rights.", "luganda": "Okuliyirira kw'akakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere mu Afirika eri Largadere kulina okukubiriza okuddamu okuggulawo abasigansimbi mu ddembe ly'abantu." }, { "english": "Legal changes have to take effect.", "luganda": "Enkyukakyuka mu mateeka zirina okutandika okukola." }, { "english": "Confederation of African Football may review its relationship with its Egyptian host.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya omupiira mu Afirika kayinza okuddamu okwetegereza enkolagana yaako ne Egypt." }, { "english": "Lagardere may exit from sports media and marketing.", "luganda": "Largere ayinza okuva mu kutumbula ebyemizannyo n'ebyakitunzi." }, { "english": "The process will take some good time.", "luganda": "Enteekateeka ejja kutwalira ddala akaseera akalungi." }, { "english": "Fans will have no access to watch matches.", "luganda": "Abawagizi tebajja kuba na lukusa kulaba mipiira." }, { "english": "The Confederation of African Football president Ahmad is controversial.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya omupiira gwa Afirika ogw'ebigere ogwa President Ahmad kaabuvuyo." }, { "english": "African governments need to invest in strong disease surveillance systems.", "luganda": "Gavumenti za Afirika zeetaaga okwongeramu amaanyi mu kunoonyereza ku ndwadde." }, { "english": "The best vaccine for Covid-19 is coming soon.", "luganda": "Eddagala erigema kkovidi kkumi na mwenda lijja amangu ddala." }, { "english": "Strong surveillance ensures a functioning health information system.", "luganda": "Okunoonyereza okw'omuggundu kufuula ebyobulamu okuba ebiramu." }, { "english": "The World Health Organization's Regional director is called Matshidiso Moeti.", "luganda": "Akulira ekitongole kya World Health Organisational mu kitundu ayitibwa Matshidiso Moeti." }, { "english": "The health conference theme was \"Reaching the Last Mile forum\".", "luganda": "Omulamwa ku kusoma ku byobulamu gwali nti \"Okutuuka ku mayiro esembayo\"" }, { "english": "Strong surveillance systems empower health workers.", "luganda": "Enkola ey'okunoonyereza ku byobulamu ezzaamu abasawo amaanyi." }, { "english": "Governments should invest in strong surveillance systems.", "luganda": "Gavumenti zirina okuteeka ssente mu kunoonyereza ku byobulamu." }, { "english": "Vaccine-preventable disease surveillance was introduced in the African region.", "luganda": "Okunoonyereza ku ndwadde eziyinza okuziyizibwa n'okugemebwa kwatandika mu kitundu kya Afirika." }, { "english": "The vaccine-preventable disease surveillance simplifies the immunization process.", "luganda": "Okunoonyereza ku ndwadde eziziyizibwa kyanguyirizaako enkola y'okugema." }, { "english": "Moeti explained that the African governments will achieve broader goals in the health system.", "luganda": "Moeti yanyinnyonnyola nti gavumenti za Afirika zijja kufuna ebigendererwa byazo ebigazi mu byobulamu." }, { "english": "Regula medical testing is health security.", "luganda": "Okukebeza okwabuli kaseera kuba kwerinda kwa byabulamu" }, { "english": "Uganda completed the first-ever Covid-19 patient in late February.", "luganda": "Uganda yafuna omulwadde waayo asooka owa Kkovid kkumi na mwenda mu Gwokubiri nga guggwako." }, { "english": "Vaccine-preventable diseases are twenty-three which affect people in Uganda.", "luganda": "Endwadde eziziyizibwa oba ezigemebwa ziri amakumi abbiri mu ssatu ezikosa abantu mu Uganda." }, { "english": "Pneumonia diarrhea and measles affect mainly children", "luganda": "Obulwadde bw'amawuggwe ekiddukano n'olukusense okusinga bikosa baana." }, { "english": "The Decade vaccine economics made research regarding the vaccine-preventable diseases.", "luganda": "Ekitongole kya Decade vaccine economics kyakola okunoonyereza ku ndwadde ezigemebwa." }, { "english": "Many children die of vaccine-preventable diseases.", "luganda": "Baana bangi baffa endwadde ezigemebwa." }, { "english": "Charles Olaro is the director of clinical and community services at the ministry of health.", "luganda": "Charles Olaro y'akulira ebyobujjanjabi n'okuweereza mu kitundu ku kitogole ky'ebyobulamu." }, { "english": "People need twenty dollars to acquire treatment for either pneumonia diarrhea or measles.", "luganda": "Abantu beetaaga doola amakumi abiri okufuna obujjanjabi bw'obulwadde bw'omu mawuggwe ekiddukano n'olukusense." }, { "english": "The study focused on direct medical costs and out-of-pocket expenses.", "luganda": "Okunoonyereza kwabadde kukwata ku muwendo gw'eddwaliro ogw'obuliwo n'ensasaanya y'ensimbi okuva mu nsawo." }, { "english": "Hospital care costs are very high.", "luganda": "Obujjanjabi bwa buseere." }, { "english": "African heads of state endorsed the Addis declaration on immunization.", "luganda": "Abakulembeze b'amawanga mu Afirika bakkaanya n'ekiwandiiko ekya Addis ekikwatagana ku kugema endwadde." }, { "english": "Countries agreed to carry out mass immunization campaigns.", "luganda": "Ensi zakkaanya okuteekawo okugema kw'ekikungu." }, { "english": "Abu Dhabi encouraged increased investment in vaccine-preventable diseases.", "luganda": "Abu Dhabi yakubiriza okwongera okusiga ensimbi mu ndwadde eziyinza okwewalibwa." }, { "english": "An investment of four billion dollars will be made over a decade.", "luganda": "Mu myaka kkumi bajja kuteekamu obuwumbi buna obwa ddoola ya America." }, { "english": "There is immense progress in vaccine coverage around the globe.", "luganda": "Waliwo ekituukiddwako eky'amaanyi okwetooloola ensi yonna." }, { "english": "The aim is to save people from diseases.", "luganda": "Ekigendererwa kya kuwonya bantu ndwadde." }, { "english": "Vaccine-preventable surveillance systems help health authorities identify areas with weak immunization coverage.", "luganda": "Enkola y'okunoonyereza ku ndwadde ezigemebwa eyamba abali mu buyinza okumanya ebitundu ebinafu mu kugema." }, { "english": "Four hundred seventy million dollars is required to boost the surveillance system in ten years.", "luganda": "Obukadde bw'ensimbi za ddoola bina mu nsanvu bwe bwetaagisa okwongera amaanyi mu kunoonyereza mu myaka kkumi." }, { "english": "The World Health Organization predicts that the investment will save more than seven hundred thousand lives.", "luganda": "Ekitongole ky'ebyobulamu mu nsi yonna kiteebereza nti okusigamu ensimbi kujja kutaasa obulamu obusukka mu lusanvu." }, { "english": "World health organization wants to progress in domestic investment for surveillance activities.", "luganda": "Ekitongole kya World Health Organisation kyagala wabeerewo okwongeza ku kuteeka ensimbi mu kunoonyereza ku ndwadde mu mawanga." }, { "english": "A Private sector firm pledged five million dollars towards the World Health Organization.", "luganda": "Ekitongole eky'obwannanyini kyasuubiza obukadde butaano obwa ddoola eri ekitongole kya World Health Organisation." }, { "english": "The World Health Organization hopes that the first pledge will encourage donors to the cause.", "luganda": "Ekitongole kya World Health organisation kisuubira nti ekisuubizo ekisooka kijja kuwa abagabirizi b'obuyambi amaanyi eri omulamwa ogwo." }, { "english": "Doctor Rebecca Martin is the director of the center for global health.", "luganda": "Omusawo Rebecca Martin y'akulira ekitongole kya centre for global health." }, { "english": "Doctor Richard Mihigo is the program manager for immunization and vaccine development in Africa.", "luganda": "Dokita Richard Mihingo y'addukanya enteekateeka y'okugema endwadde mu Afirika." }, { "english": "Governments have a crucial role to play in improving immunization.", "luganda": "Gavumenti zirina omulimu gw'amaanyi ogw'okukola mu kulongoosa ebyokugema." }, { "english": "Vaccine-preventable diseases are very many.", "luganda": "Obulwadde obwewalika mu kugema bungi." }, { "english": "Some diseases have no cure.", "luganda": "Endwadde ezimu teziyina ddagala." }, { "english": "The regime of Omar Al-Bashir was ousted after his thirty years of leadership.", "luganda": "Omulembe gwa Omar Al- Bashir gwamwamulwako oluvannyuma lw'emyaka asatu mu bukulembeze." }, { "english": "The youth and women led the peaceful demonstrations.", "luganda": "Abavubuka n'abakazi be baakulemberamu okwekalakaasa mu ddembe." }, { "english": "The military and the Sudanese civil society signed the constitutional declaration.", "luganda": "Amagye n'ebibiina ebigabirizi by'obuyambi mu Sudan byateeka omukono ku kiwandiiko kye bagenda okugoberera." }, { "english": "Power-sharing paved the way for a transitional government that will serve for three years.", "luganda": "Okugabana obuyinza kwe kwaleetera okuteekawo gavumenti ey'ekiseera egenda okubeera mu buyinza okumala emyaka esatu." }, { "english": "Sudan got its first female chief justice.", "luganda": "Sudan yafuna Ssaabalamuzi omukyala asookedde ddala mu byafaayo." }, { "english": "The Sudanese prime minister had previously worked for international organizations.", "luganda": "Ssaabaminisita w'e Sudan yali akoleddeko mu bitongole by'ensi yonna." }, { "english": "The agreement between the civilian and military leaders ensured that peace prevailed in Sudan.", "luganda": "Endagaano wakati w'amagye n'abantu abaabulijjo yateekawo emirembe mu Sudan." }, { "english": "The new government looks at reviving the economy.", "luganda": "Gavumenti empya eruubirira kuzza ngulu byanfuna bya ggwanga." }, { "english": "There is rampant destitution corruption war and internal division.", "luganda": "Waliwo okulya enguzi entalo n'okweyawulayawulamu munda." }, { "english": "Sudanese income per capita declined by half according to the international monetary fund.", "luganda": "Ennyingiza ya buli muntu ssekinnoomu yakka n'ebitundu kimu kyakubiri okusinziira ku international monetary fund." }, { "english": "The international monetary fund expects the economy to contract by two point six percent this year.", "luganda": "Ekitongole kya international monetary fund kisuubira nti ebyenfuna bijja kugwa omwaka guno n'ebitundu bibiri n'obutundutundu mukaaga." }, { "english": "Sudan is above twenty percent unemployment rate.", "luganda": "Abasudani abatalina mirimu basukka amakumi abiri ku kikumi." }, { "english": "The Sudanese government should find lasting solutions to the people's challenges.", "luganda": "Gavumenti ya Sudan erina okubaako ky'ekola okugonjoola okusoomozebwa abantu kwe basanga." }, { "english": "Sudan has made losses in the oil earnings since two thousand eleven.", "luganda": "Sudan efiiriddwa nnyo mu byenfuna byayo mu oil okuva mu nkumi bbiri kkumi na gumu." }, { "english": "Sudan should engage in industrialization and agricultural mechanization.", "luganda": "Sudan yandyenyigidde mu by'amakolero obulimi n'obulunzi obw'okukozesa ebyuma" }, { "english": "The Sudanese government should promote democratic ideals and peace.", "luganda": "Gavumenti ya Sudan erina okuwa abantu eddembe lyabwe okulonda abantu be baagala n'emirembe." }, { "english": "The government should lead the path towards development.", "luganda": "Gavumenti y'erina okukulemberamu mu byenkulaakulana." }, { "english": "Poland laid a democratic foundation after the collapse of the communist regime.", "luganda": "Poland yateekawo omusingi ogwa demokolasiya oluvannyuma lw'okugwa kw'obukulembeze obwobwannanyini ttwaliwamu." }, { "english": "Ethnic strife leads to years of violence instability and economic collapse.", "luganda": "Okwegugunga mu mawanga kuleetera emyaka egy'obwannalukalala entalo n'ebyenfuna okugwa." }, { "english": "The Sudanese people should be shown solidarity after several years of despotic rule.", "luganda": "Abasudani bateekeddwa okulagibwa obumu oluvannyuma lw'emyaka mingi egy'obukulembeze bwannakyemalira" }, { "english": "The global attention for faraway countries is short.", "luganda": "Okufaayo kw'ensi yonna okw'ensi ez'ewala kutono." }, { "english": "The global focus is on trade and finance.", "luganda": "Ensi yonna omulamwa egutadde ku byanfuna na byabusuubuzi." }, { "english": "The world should give attention to the impoverished country of forty-three million people.", "luganda": "Ensi esaanye efeeyo ku nsi enjavu ennyo ey'abantu obukadde ana mu busatu." }, { "english": "Sudan will create stability in the Horn of Africa and the middle east.", "luganda": "Sudan ejja kutondawo obutebenkevu mu Afirika ne mu masekkati g'obuvanjuba." }, { "english": "The destabilization of Sudan will create instabilities in other countries.", "luganda": "Sudan okuddamu okutereera kijja kutondawo obutabanguko mu nsi endala." }, { "english": "Sudan needs international assistance.", "luganda": "Sudan yeetaaga obuyambi okuva mu mawanga ag'ebweru." }, { "english": "Sudan needs the United States of America to remove trade and financial barriers.", "luganda": "Sudan yeetaaga America okugiggyako nnatti y'ebyenfuna n'obusuubuzi." }, { "english": "The United States should remove Sudan from the state sponsors of terrorism list.", "luganda": "United States esaanye eggye Sudan ku lukalala lw'ezo ensi ezivujjirira bannalukalala." }, { "english": "The new government brought forward the Sudanese economic revival plan.", "luganda": "Gavumenti empya yaleeta enteekateeka ez'okuzza ebyenfuna bya Sudan ku luguudo." }, { "english": "The Sudanese government looks at improving education health and infrastructure.", "luganda": "Gavumenti y'e Sudan eri mu kulaba nga erongoosa ebyensoma ebyobulamu n'ebizimbe byayo." }, { "english": "The government should increase its tax base.", "luganda": "Gavumenti erina okulinnyisa omusolo gwayo." }, { "english": "Sudan needs debt relief to access new funding from the World bank.", "luganda": "Sudan yeetaaga okusonyiyibwa mu mabanja amakadde okusobola okuddamu okufuna ensimbi okuva mu bbanka y'ensi yonna." }, { "english": "Most of the lower-income countries were heavily indebted in the nineteen nineties.", "luganda": "Amawanga amankuseere agasinga obungi mu myaka gy'olukumi mu lwenda kyenda gaalina amabanja mangi nnyo." }, { "english": "Sudan was excluded from the heavily indebted poor country program.", "luganda": "Sudan baagiggya ku lukalala lw'ago amawanga agalina amabanja amangi." }, { "english": "Global media is interested in African football.", "luganda": "Emikutu gy'amawulire egy'ensi yonna gyagala nnyo omupiira gwa Afirika ogw'ebigere." }, { "english": "Confederation of African football may get more money out of Lagardere.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere mu Afirika kayinza okwongera okufuna ssente endala mu Lagardere." }, { "english": "The confederation of African football is under Swiss laws.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere mu Afirika kali wansi w'amateeka ga Swiss." }, { "english": "The Confederation of African football hopes to settle disputes with Lagardere at a lower cost.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere mu Afirika kasuubira okutereeza enkaayana zaako ne Lagardere ku bisale ebitono." }, { "english": "Confederation of African football should reopen bidding for the rights.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere mu Afirika kaddemu kaggulewo okusiga ensimbi mu ddembe ly'abantu." }, { "english": "New broadcasters will obtain rights to broadcast the beautiful game of Africa.", "luganda": "Emikutu emipya gijja kufuna olukusa okuweereza omuzannyo gwa Afirika." }, { "english": "The confederation of African football will lose some revenue.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya omupiira gw'ebigere kajja kufiirwa omusolo ogumu." }, { "english": "Chuka Onwumwechili is a professor of communications at Howard University.", "luganda": "Chuka Onwumwechili ye pulofeesa w'ebyempuliziganya ku Howard University." }, { "english": "The health surveillance systems ensure early detection response to risks of outbreaks.", "luganda": "Enkola ey'okunoonyereza ku byobulamu eyambako okuzuula endwadde nga bukyaali okwenganga obulabe bw'endwadde ezibalukawo." }, { "english": "Vaccine-preventable disease surveillance responds to early outbreaks.", "luganda": "Okunoonyereza ku ndwadde eziziyizibwa kiyambako okutangira endwadde ezibalukawo amangu." }, { "english": "World health organization organized a conference for over three hundred leaders around the world.", "luganda": "Ekitongole kya World Health Organisation kyategese olukungaana olw'abakulembeze abasukka mu bikumi bisatu okwetooloola ensi yonna." }, { "english": "Strong surveillance improves the decision-making of health workers.", "luganda": "Enkola y'okunoonyereza ku byobulamu eyamba ku basawo okukola okusalawo okulungamu." }, { "english": "Countries should invest in vaccine-preventable disease surveillance to improve their health systems.", "luganda": "Ensi zirina okusiga mu nkola y'okunoonyereza ku ndwadde eziziyizibwa okusobola okulongoosa ebyobulamu byabwe." }, { "english": "The vaccine-preventable disease surveillance saves lives.", "luganda": "Enkola y'okunoonyereza ku ndwadde eziziyizibwa etaasa obulamu." }, { "english": "Sustainable development goals include an improved health system.", "luganda": "Ebimu ku biruubirira by'enkulaakulana mulimu ebyobulamu ebirungi oba ebiri ku mutindo." }, { "english": "Three of the vaccine-preventable diseases include pneumonia diarrhea and measles.", "luganda": "Endwadde essatu zinnamutta ezigemebwa kuliko akalaakiiro ekiddukano n'olukusense." }, { "english": "People spend huge sums of money to control pneumonia diarrhea and measles.", "luganda": "Abantu basasaanya ensimbi mpitirivu mu kwewala obulwadde bw'akalaakiiro ekiddukano n'olukusense." }, { "english": "The health research was submitted to the policymakers.", "luganda": "Ebyava mu kunoonyereza byaweerezeddwa eri abo abakola amateeka." }, { "english": "People should go for vaccination programs.", "luganda": "Abantu balina okugenda ku nteekateeka z'okugema endwadde." }, { "english": "People need four dollars to acquire treatment in a private not for profit facility.", "luganda": "Abantu beetaaga ddoola nnya okufuna obujjanjabi okuva mu malwaliro ag'obwannyannyini nga si gaabuseere agataluubirira kukola magoba." }, { "english": "The health study also focused on productivity losses based on observed practice.", "luganda": "Okunoonyereza ku byobulamu era kwafuddeyo nnyo ku kufiirwa mu kutuukiriza nga kwesigamiziddwa ku byetegerezeddwa." }, { "english": "An African Union summit took place in Addis Ababa in January two thousand seventeen.", "luganda": "Omukago gwa Afirika ogw'obwegassi gwaliwo mu Addis Ababa mu Gusooka mu nkumi bbiri kkumi na musanvu." }, { "english": "Nine hundred thousand lives will be saved.", "luganda": "Abantu emitwalo kyenda be bajja okutaasibwa." }, { "english": "One and half million people died of vaccine-related diseases in two decades.", "luganda": "Abantu akakadde kamu n'ekitundu bebaafa endwadde ezekuusa kukugemebwa mu myaka abiri." }, { "english": "Twenty million people will be saved from illnesses.", "luganda": "Abantu obukadde abiri bajja kutaasibwa endwadde." }, { "english": "The World Health organization wants to mobilize international resources to create strong disease surveillance.", "luganda": "Ekitongole ky'ebyobulamu eky'ensi yonna kyagala kukunga amawanga gonna okuwaayo ebikozesebwa okusobola okuteekawo okugoberera kw'obulwadde okw'omugunddu." }, { "english": "The center for global health looks at ensuring health security by strengthening health systems.", "luganda": "Ettabiro ly'ebyobulamu bw'ensi yonna litunuulira kunyweeza ebikozesebwa mu bulamu." }, { "english": "Doctor Richard explained that the biggest challenge is that African countries lack income.", "luganda": "Musawo Richard yanyonyodde nti okusoomozebwa amawanga g'abadugavu kwe galina kwekuba nti tegalina nsimbi." }, { "english": "Influenza cholera hepatitis A plague rabies", "luganda": "Senyiga kolera obulwadde bw'ekibumba oluwumu olukuku" }, { "english": "There were peaceful protests in Sudan in December two thousand nineteen.", "luganda": "Waaliwo okwekalakaasa okwemirembe e Sudan mu Gwekkumi n'ebiri wa bbiri kkumi namwenda." }, { "english": "Two women were included on the Sudan sovereign council.", "luganda": "Abakazi babiri baayongeddwa ku lukiiko lwa Sudan olw'ekyama." }, { "english": "The new government will resolve internal conflicts.", "luganda": "Gavumenti empya ejja kugonjoola obukuubagano obwomunda." }, { "english": "The Gross Domestic Products per capita decreased since two thousand thirteen in Sudan.", "luganda": "Ssente buli maka mu Sudan zegafuna zaakendeera okuva mu nkumi bbiri kkumi n'esatu." }, { "english": "The inflation will exceed fifty percent this year.", "luganda": "Ebbeyi y'ebintu yakulinnya ebitundu ataano ku buli kikumi omwaka guno." }, { "english": "Sudanese gross government debt is over two hundred percent of the Gross Domestic Product.", "luganda": "Ebbanja gavumenti ya Sudan ly'erina lisukka ebitundu ebikumi bibiri ku kikumi ku byamaguzi by'omuggwanga." }, { "english": "The loss came after the independence of South Sudan.", "luganda": "Okufiirwa kwatuukawo luvannyuma lw'ameefuga ga Sudan eyamaserengeta." }, { "english": "Economic growth and new economic policies were laid thirty years ago.", "luganda": "Okuyitimuka mu byenfuna n'amateeka genkulaakulana gaateekebwa emyaka asatu emabega." }, { "english": "Other areas of focus include rising tensions among big powers and elections in countries.", "luganda": "Ebintu ebirala eby'okutunuulira mulimu obunkenke obweyongedde mu mawanga ga kirimaanyi n'okulonda mu mawanga." }, { "english": "The assistance can either ensure the success of new government reforms or fail them.", "luganda": "Obuyambi busobola okwesigamizibwako okutumbula enkola za gavumenti oba okuziremesa." }, { "english": "The Sudanese government needs to address some of the pressing needs.", "luganda": "Gavumenti ya Sudan yeetaaga okugonjoola ebimu ku bizibu ebisinga." }, { "english": "The economic revival plan is based on the United Nations development goals.", "luganda": "Okuddabulula eby'efuna kusinziira ku biruubirirwa by'ekibiina ky'amawanga amagatte." }, { "english": "The government should pay its foreign debt.", "luganda": "Gavumenti erina okusasula ebbanja lyayo ery'ebweru." }, { "english": "This was because of the previous president Omar Hassan al-Bashir.", "luganda": "Kino kyava ku Pulezidenti eyakavaako Omar Hassan al-Bashir." }, { "english": "The surveillance systems avoid unnecessary deaths.", "luganda": "Enkola eyokulondoola eziyiza okufa okwekyeyonoonero." }, { "english": "Vaccine-preventable disease surveillance mitigates national security local economy and public health systems.", "luganda": "Okugoberera endwadde ezigemebwa kikendeeza ku bukuumi mu ggwanga enfuna y'abantu n'embeera y'obujanjabi." }, { "english": "The conference took place in Abu Dhabi in November.", "luganda": "Ttabamiruka yali mu Abu Dhabi mu mwezi Ogwekkumi n'ogumu." }, { "english": "African countries have challenges in the strategic planning and operation of their surveillance systems.", "luganda": "Ensi za Afirika zirina obuzibu okuteekateeka mu ngeri eyekikugu n'okugoberera ebikozesebwa." }, { "english": "Heads of state agreed that everyone in Africa was entitled to immunization.", "luganda": "Abakulembeze b'amawanga bakkiriziganya nti buli omu mu Afirika agwanira okugemebwa." }, { "english": "Doctor Seth explained that people are still dying of vaccine-preventable diseases.", "luganda": "Musawo Seth yanyonyodde nti abantu bakyafa endwadde eziziyizibwa n'okugemebwa." }, { "english": "Twenty-one billion dollars will be saved in a decade", "luganda": "Obuwumbi abiri mu kamu obwa ddoola bwe bujja okuterekebwa mu myaka ekkumi." }, { "english": "The health systems will avoid epidemics detect threats and respond rapidly to outbreaks.", "luganda": "Enkola z'ebyobulamu zijja kutangira okugwawo kwebirwadde okulabula ku kugwawo n'okuddamu nga ekirwadde kiguddewo." }, { "english": "Sudan got its first female foreign minister.", "luganda": "Sudan yafunye minisita ow'ebweru omukyala asooka." }, { "english": "The new government looks at resettling the displaced people.", "luganda": "Gavumenti empya etunuulira kutebenkeza bantu ababundabunda." }, { "english": "The current government is appealing to the International Monetary Fund.", "luganda": "Gavumenti empya eddukidde eri ekitongole ekiwozi ky'ensimbi eri amawanga." }, { "english": "Poland was granted deep relief on its debts.", "luganda": "Poland yaweebwa okuwummuzibwamu mu mabanja." }, { "english": "Sudan needs debt relief.", "luganda": "Sudan yeetaaga okusonyiyibwa amabanja." }, { "english": "Sudan faces serious challenges.", "luganda": "Sudan erina okusoomozebwa okw'amaanyi." }, { "english": "The Sudanese are hopeful people.", "luganda": "Abasudan bantu abalina essuubi." }, { "english": "A popularly backed government can restore stability.", "luganda": "Gavumenti erina obuyambi obumala okusobola okuzza emirembe." }, { "english": "Sudanese youth and women are free from oppression.", "luganda": "Abavubuka n'abakyala Abasudani tebakyanyigirizibwa." }, { "english": "They request for a better future.", "luganda": "Basaba ebiseera by'omu maaso ebirungi." }, { "english": "Destiny must answer their call.", "luganda": "Entuuko erina okubaddamu." }, { "english": "The Minister of Finance and Economic planning of Sudan is Ibrahim Elbadawi.", "luganda": "Minisita w'ebyensimbi n'okulungamya mu Sudan ye Ibrahim Elbadawi." }, { "english": "Jeffrey D. Sachs is University Professor at Columbia University.", "luganda": "Jeffrey D. Sachs pulofeesa ku yunivaasite ya Columbia." }, { "english": "The appeal will evolve towards peace and democracy.", "luganda": "Omulanga gujja kwetooloolera ku mirembe nabwenkanya." }, { "english": "Both politicians and their supporters confuse the voters and the supporters.", "luganda": "Bannabyabufuzi n'abawagizi baabwe batabula abalonzi n'abawagizi." }, { "english": "Voters and supporters are two different categories of people.", "luganda": "Abalonzi n'abawagizi bantu ba biti byanjawulo." }, { "english": "Mbarora Burora Ninseka who ran for a local council elective position in Buganda", "luganda": "Mbarora Burora Ninseka yeyesimbawo ku bw'akakiiko k'ekyalo mu Buganda." }, { "english": "The candidate has three wives and five children.", "luganda": "Eyesimbyewo alina abakazi basatu n'abaana bataano." }, { "english": "The breadwinner has a supportive family.", "luganda": "Alabirira awaka alina famire efaayo." }, { "english": "Mbarara was escorted by his spouses and children to campaign meetings.", "luganda": "Mbarora yawerekeddwa mukyala we n'abaana ku nkiiko z'okunoonya obululu." }, { "english": "The children mobilized crowds to cheer their father.", "luganda": "Abaana baayise abantu okuwagira Taata waabwe." }, { "english": "Mbarora lost the election to his competitor.", "luganda": "Mbarora yawangulwa mu kalulu." }, { "english": "The story is mainly about how he lost the election.", "luganda": "Emboozi okusinga ekwata ku ngeri gye yawangulwamu mu kulonda." }, { "english": "Mbarora's entire family did not have a registered voter.", "luganda": "Famire ya Mbarora yonna teyafunayo wadde akalulu." }, { "english": "It is important to know the difference between campaigning and voting.", "luganda": "Kikulu nnyo okumanya enjawulo wakati w'okukuyega n'okulonda." }, { "english": "Political campaign rallies gather crowds only to end with dismal voter turnout.", "luganda": "Enkungaana z'ebyobufuzi zikungaanya abantu bangi naye bamaliriza obululu bafunye butono." }, { "english": "Most people who cheer at political meetings are only supporters and not voters.", "luganda": "Abantu abasinga abakungaana mu nkungaana z'ebyobufuzi babeera bawagizi si balonzi." }, { "english": "The politics counting frame begins with getting on the voters' register.", "luganda": "Okwenyigira mu byobufuzi kutandikira mu kubeera ku nkalala z'abalonzi." }, { "english": "Uganda has a 19.4 million voting population.", "luganda": "Uganda erina abalonzi obukadde kkumi na mwenda n'obutundutundu buna." }, { "english": "The National Identification and Registration Authority registered sixteen million and four hundred voters.", "luganda": "Ekitongole ekivunanyizibwa ku kuwandiisa abantu kyawandiika abalonzi obukadde kkumi na mukaaga mu emitwalo ana" }, { "english": "The Electoral Commission is updating the National Voters' Register at each update station in every parish.", "luganda": "Akakiiko k'ebyokulonda kazza bujja enkalala z'ebyokulonda ku buli awajjuzibwa ku buli muluka." }, { "english": "Citizens aged eighteen and above can register to vote.", "luganda": "Abatuuze abawezezza emyaka kkumi na munaana basobola okwewandiisa okulonda." }, { "english": "Registered voters can confirm registration at their voting locations.", "luganda": "Abalonzi abewandiisa basobola okukakasa amannya gaabwe mu bifo webalondera." }, { "english": "Special interest groups will have their registration updated.", "luganda": "Abantu ab'ebiti eby'enjawulo nabo bajja kuzza bujja enkalala." }, { "english": "People who intend to vote should already be on the voting register.", "luganda": "Abantu abaagala okulonda balina okubeera ku nkalala z'okulonda." }, { "english": "The national Identification card does not guarantee voter registration.", "luganda": "Endagamuntu tekakasa muntu kulonda." }, { "english": "There is no provision for online voter registration.", "luganda": "Tewali nkola ya kwewandiisiza ku mutimbagano." }, { "english": "Voters should physically visit updated stations in their parish.", "luganda": "Abalonzi balina okwetuukira webatereereza enkalala ku magombolola." }, { "english": "Visiting the update stations is a way to confirm voter registration.", "luganda": "Okutuuka webazizza enkalala obuggya y'engeri y'okukakasa obuwandiise bw'okulonda." }, { "english": "Individuals should upgrade personal status from supporter to voter.", "luganda": "Abantu balina okuzza obuggya ebibakwatako okuva mu kuwagira bafuuke abalonzi." }, { "english": "Country shareholders have the chance to activate their shareholding rights.", "luganda": "Abalina emigabo mu ggwanga balina omukisa okukozesa eddembe lyabwe olw'emigabo." }, { "english": "Real citizens should participate as a way to refuse being silenced.", "luganda": "Abatuuze bennyini balina okwenyigiramu baleme okubuutikirwa." }, { "english": "Everything rises and falls on the numbers with politics.", "luganda": "Buli kimu kirinnya ne kikka mu muwendo mu byobufuzi." }, { "english": "Brilliant ideas are backed by voters and not just supporters.", "luganda": "Ebirowoozo ebirungi biwagirwa abalonzi so si bawagizi bokka." }, { "english": "Voters should secure their ability to vote", "luganda": "Abalonzi balina okunyweza obusobozi bwabwe okulonda." }, { "english": "The paint coat is peeling off.", "luganda": "Langi egagambuka." }, { "english": "Shoddy work is a symptom of poor supervision.", "luganda": "Emirimu egikolebwa mu ngeri ya gadibe ngalye giraga obutagobererwa bakulu." }, { "english": "The contract had provisions to cover the defects liability period.", "luganda": "Endagaano yali ejja kusasulira ebiyinza okwonooneka nga emirimu giwedde.." }, { "english": "The bus terminal is one of many such projects in Uganda funded by the World Bank's International Development Agency", "luganda": "Omukutu gwa kayoola gwe gumu ku mirimu mu Uganda egivugirirwa ekitongole kya bbanka y'ensi yonna eky'ebyenkulaakulana." }, { "english": "The Ministry of Lands Housing and Urban Development implemented this project to support infrastructure development.", "luganda": "Minisitule y'ebyettaka n'amayumba yatandika omulimu guno okuyambako okutumbula eby'ensula." }, { "english": "The program was designed to enhance institutional performance to improve urban service delivery.", "luganda": "Pulogulamu yategekebwa okuyambako ebitongole kisobozese okutumbula empeereza mu bibuga." }, { "english": "The project was rocked by challenges that included cost and time overruns.", "luganda": "Omulimu gwafuna obuzibu obuva ku miwendo n'okuwanvuya ddi lwegunaggwa." }, { "english": "District and municipal officials were forced to resign in the public interest.", "luganda": "Abakungu ku disitulikiti balina okulekulira okusinziira ku kwagala kw'abantu." }, { "english": "District leaders were locked in bitter public spectacles over project management.", "luganda": "Abakulu ku disitulikiti bawanyisiganya ebisongovu olwa pulojekiti." }, { "english": "Mbale roads were unusable because of soil heaps dumped by the contractor.", "luganda": "Enguudo z'e Mbale zaali teziyitikamu olw'entuumo z'ettaka ezaatekebwamu abakozi baalwo." }, { "english": "Projects were executed because of the keen interest of the municipal leadership.", "luganda": "Pulojekiti zatuukirizibwa olwokwagala okw'enjawulo abakulu ba munisipaali kwe balina." }, { "english": "The project aimed to improve urban planning.", "luganda": "Pulojekiti yagenderera kukyuusa nteekateeka ya kibuga." }, { "english": "Moroto Bus Terminal has been shunned by the bus operators", "luganda": "Omukutu gwa kayoola ogw'e Moroto gwayiwa abaddukanya kayoola." }, { "english": "Ayub Mukisa works with the Karamoja anti-corruption coalition.", "luganda": "Ayub Mukisa akola n'akakiiko akalwanyisa enguzi mu Karamojja." }, { "english": "Kenyan police officers brutalized a student during a recent protest.", "luganda": "Poliisi y'e Kenya yakubye bubi omuyizi mu kwekalakaasa okwakabeerawo." }, { "english": "Police officers from different stations descended on protesting learners.", "luganda": "Abasirikale okuva mu bifo eby'enjawulo bakakkanye ku bayizi abaabadde beekalakaasa." }, { "english": "The police officers gave stabbers and muggers a run for their money.", "luganda": "Boffiisa ba poliisi baawadde abalwaanyi akaseera akazibu." }, { "english": "The public outcry was a result of the images of police action.", "luganda": "Emiranga mu batuuze gyavudde ku bifaananyi by'ebikolwa bya poliisi." }, { "english": "The involved police officers were put under investigation.", "luganda": "Abaserikale ababyenyigiddemu bali mu kunoonyerezebwako." }, { "english": "Police officers were charged with the murder of a lawyer and his client.", "luganda": "Abaserikale baasaliddwa gwa kutta looya ne kasitoma we." }, { "english": "The woman was hit with a baton during a protest over fees at the University of Nairobi.", "luganda": "Omukazi yakubiddwa battuuni mu kwekalakaasa olw'ebisale ku University of Nairobi." }, { "english": "Decades of policy reforms have not yielded a change in Kenya.", "luganda": "Emirembe egy'okukyusa ebigobererwa tebivuddemu ky'amakulu mu Kenya." }, { "english": "Graphic details of the murder emerged during the trial.", "luganda": "Obujulizi obukakasa okutta bwaleetebwa mu musango." }, { "english": "News reports about police officers surface as a public scandal.", "luganda": "Amawulire ku boffiisa ba poliisi gaalabise nga okunenengana." }, { "english": "Police abuse in Kenya has shown a significant increase over the years.", "luganda": "Okubonyabonya kwa poliisi y'e Kenya kugenze kweyongera mu myaka egiyise." }, { "english": "Police abuse has become worse in Nairobi.", "luganda": "Poliisi okutulugunya abantu kususse mu Nairobi" }, { "english": "An increase in police harassment has been documented.", "luganda": "Okweyongera mu kutulugunya kwa Poliisi kuwandiikiddwako." }, { "english": "Police officers habitually raid houses and execute random arrests.", "luganda": "Boffiisa bapoliisi entakera balumba amayumba nebakwata abantu ne babasiba." }, { "english": "Police misconduct in Kenya is not exceptional.", "luganda": "Poliisi okumenya amateeka mu Kenya tettirwa ku liiso." }, { "english": "Police misconduct is structural and a part of everyday policing.", "luganda": "Poliisi okumenya amateeka kiri mu buzimbe era kitundu ku bulamu bwabwe obwabulijjo." }, { "english": "Police misconduct realization is far from recent.", "luganda": "Okuzuula obumenyi bw'amateeka bwa poliisi bumaze e bbanga." }, { "english": "There are ongoing efforts to transform the Kenyan police.", "luganda": "Waliwo ebikolebwa okulaba nga poliisi y'e Kenya ekyuusibwa." }, { "english": "The researcher interviewed police officers stationed in various parts of Nairobi.", "luganda": "Omunoonyereza yabuuzizza boffiisa bapoliisi abali mu bitundu eby'enjawulo mu Nairobi." }, { "english": "Police misconduct had become part of everyday police work.", "luganda": "Poliisi okumenya amateeka kibadde kifuuse kitundu ku mirimu gyabwe." }, { "english": "Research shows that the problem lies with police cultures.", "luganda": "Okunoonyereza kulaga nti ekizibu kiva ku nneyisa ya poliisi." }, { "english": "In some police forces certain attitudes condone various forms of misconduct.", "luganda": "Mu poliisi ezimu waliyo embeera ezikkiriziganya n'emize gyonna." }, { "english": "There is a sense of impunity in certain cultures.", "luganda": "Waliwo embeera eyobutagambwako mu mawanga agamu." }, { "english": "Some police officers saw misconduct as part of their work.", "luganda": "Boffiisa bapoliisi abamu baalaba obumenyi bw'amateeka nga ekitundu ku mirimu gyabwe." }, { "english": "Other officers feared to speak out against their colleagues.", "luganda": "Boffiisa abamu baatidde okuwaayo bannaabwe." }, { "english": "New structures and laws have been introduced as a measure for police misconduct.", "luganda": "Amateeka amapya ganjuddwa nga engeri y'okukendeeza ku poliisi okumenya amateeka." }, { "english": "The objective is to create a democratic and accountable police service that is not politicized.", "luganda": "Ekigendererwa kya kutondawo mbeera nga poliisi esobola okukwatibwako nga teri mu byabufuzi." }, { "english": "Police reform was a crucial part of a program under President Mwai Kibaki.", "luganda": "Okukyusa poliisi kyali ku mwanjo ku nteekateeka za Mwai Kibaki." }, { "english": "Initiatives were designed to transform the security and justice sector.", "luganda": "Enkola ez'enjawulo zayanjulibwa okukyusa mu nkwasisa y'amateeka n'obwenkanya." }, { "english": "The state police have been viewed as an instrument for control.", "luganda": "Poliisi y'eggwanga erabibwa nga ekozesebwa okufuga." }, { "english": "A task force on reform was founded by the state police.", "luganda": "Akakiiko ku nkyukakyuka kaateekebwawo poliisi y'eggwanga." }, { "english": "It was an encompassing and ambitious reform program.", "luganda": "Enkola yali nnambulukufu era nga eruubirira bingi." }, { "english": "The reform program did not lead to substantial changes.", "luganda": "Enkola ey'enkyukakyuka teyaleetawo nkyukakyuka ya muggundo." }, { "english": "Police were deeply implicated after the presidential elections.", "luganda": "Poliisi yavunaanibwa nnyo oluvannyuma lw'okulonda." }, { "english": "A large number of people died as a result of police actions.", "luganda": "Abantu bangi baafa olw'ebikolwa bya poliisi." }, { "english": "Concrete legislative changes followed after the death of people.", "luganda": "Enkyukakyuka mu bifo eby'obukulembeze zaddirirwa oluvannyuma lw'okufa kw'abantu." }, { "english": "The National Police Service Act was first published in the year two thousand eleven.", "luganda": "Etteeka eriteekawo poliisi lyabagibwa mu nkumi bbiri mu kkumi na gumu." }, { "english": "Transforming the police force into police service resulted in a wide range of changes.", "luganda": "Okukyusa poliisi okuva mu kukozesa eryaanyi ne bufuuka obuweereza kyaleetawo enkyukakyuka ez'amaanyi." }, { "english": "Changes were centered towards collaboration and better service.", "luganda": "Enkyukakyuka okusinga zaali mu kukolagana nabuweereza bulungi." }, { "english": "Two oversight bodies were created.", "luganda": "Ebitongole bibiri ebilondoola ebirala byatondebwa." }, { "english": "The internal affairs unit was set up under the National Police Service set.", "luganda": "Ekitongole ky'ensonga zomunda kyateekebwawo wansi wa poliisi y'eggwanga." }, { "english": "The internal unit handles police misconduct internally.", "luganda": "Ekitundu ky'ensonga z'omunda kikwasaganya n'enneyisa embi mu poliisi." }, { "english": "The unit will receive and investigate complaints against police officers.", "luganda": "Ekitongole kijja kukwasaganya okunoonyereza n'okwemulugunya eri boffiisa bapoliisi." }, { "english": "Antonio Guterres is the Sustainable Development Goals Advocate for the United Nations Secretary-General.", "luganda": "Antonio Guterres yemulwanirizi w'ebyenkulaakulana ebyekyasa eri omuwandiisi w'amawanga amagatte." }, { "english": "The Independent Policing Oversight Authority was established.", "luganda": "Ekitongole ekirabirira poliisi by'ekola kyatondeddwawo." }, { "english": "The authority is required to investigate police misconduct.", "luganda": "Ekitongole kivunaanyizibwa okulondoola emize gya poliisi." }, { "english": "There are two oversight bodies.", "luganda": "Waliwo ebitongole bibiri ebiketta ebirala." }, { "english": "Added to these were a range of other initiatives.", "luganda": "Ebikolebwa ebirala bingi ebyagattiddwa ku bino." }, { "english": "There are social justice groups along with several other human rights organizations.", "luganda": "Waliwo ebitongole ebirwanirira obwenkanya wamu n'ebirala ebirwanirira eddembe ly'obuntu." }, { "english": "Despite all these efforts police brutality continues.", "luganda": "Newankubadde bino byonna bikolebwa obukambwe bwa poliisi bukyaliwo." }, { "english": "The answer lies with the police themselves as my research found.", "luganda": "Ebyokuddamu byonna biri eri poliisi okusinziira kukunoonyereza kwange." }, { "english": "Speaking out can lead to isolation and exclusion.", "luganda": "Okwogerako kiyinza okukuleetera okuboolebwa nokusindikirizibwa." }, { "english": "It can also result in the denial of promotions or outright punishment.", "luganda": "Kisobola okuviirako okummibwa okukuzibwa n'ebibonerezo." }, { "english": "Another factor solidarity seems to have been in play too.", "luganda": "Ekirala walabika wabaddewo okukolera awamu." }, { "english": "The Independent Policing Oversight Authority survey also reported.", "luganda": "Okunoonyereza kw'ekibiina eky'obwannamunigina ekigoberera emirimu gya Poliisi bwe kyagambye." }, { "english": "The answer to ending police brutality therefore largely lies with the police themselves.", "luganda": "Ekyokuddamu eri okukendeeza obukambwe bwa poliisi okusinga kuli eri bo bennyini." }, { "english": "Officers need to realize that police violence is outright bad policing.", "luganda": "Abasirikale balina okumanya nti okutulugunya kwa poliisi nkola mbi." }, { "english": "To achieve this a change in mindset needs to happen.", "luganda": "Okufuna kino walina okubeerawo okukyuusa mu ndowooza." }, { "english": "This needs external support from donors and civil society for example.", "luganda": "Kino kyeetaaga obuyambi okuva ebbali okuli bannakyewa n'ebibiina ebiyamba abantu." }, { "english": "And it can be guided by additional monitoring.", "luganda": "Era kisobola okutereezebwa n'okwekennenyezebwa." }, { "english": "Yet the change essentially needs to be driven from within.", "luganda": "Sso nga ate okukyuka kulina kuva munda." }, { "english": "Police officers need to begin to see police misconduct as detrimental rather than beneficial.", "luganda": "Boffiisa bapoliisi balina okukimanya nti emize gya poliisi gyonoona okusinga okuyamba." }, { "english": "It can be promoted by revamped training curricula.", "luganda": "Kiyinza okutumbulwa nga ensomesa eyongeddwamu." }, { "english": "Tessa Diphoorn is Assistant Professor Utrecht University.", "luganda": "Tessa Diphoorn ye polofeesa ayambako ku Ssetendekero lya Utrecht." }, { "english": "He later said that more people are being able to share their perspectives.", "luganda": "Oluvannyuma yagambye nti abantu bangi basobola okuwaayo endowooza zaabwe." }, { "english": "The speech anointed Facebook as the \"Fifth Estate\".", "luganda": "Emboozi yalaze nga Facebook bw'eri ensulo y'amawulire." }, { "english": "The platform Zuckerberg created does more than give people a voice bringing them together.", "luganda": "Omukutu Zuckerberg gweyakola gusukka mu kuwa abantu eddoboozi n'okubagatta awamu." }, { "english": "It is economically incentivized to drive people apart.", "luganda": "Ensimbi zigabwa okusobola okwawula abantu." }, { "english": "In the process it shatters an underpinning of democracy.", "luganda": "Mu ngeri kimalawo okwemulugunya ku nkola eya demokulasiya." }, { "english": "From broadcasting to target casting.", "luganda": "Okuva mu kuweereza wonna nodda mu kulondamu ebiweerezebwa." }, { "english": "Maximizing revenue from advertising meant offending as few readers as possible.", "luganda": "Okusoolooza ssente mu kulanga kyategeeza butanyiiza basomi bangi." }, { "english": "The search for balance began to retreat with the arrival of cable television.", "luganda": "Okunoonya okwenkanyankanya kwakendeera oluvannyuma lwokujja kwa terefayina ez'okusasulira" }, { "english": "The targeting capability of social media algorithms.", "luganda": "Ekiruubirirwa bwe busobozi bw'emikutu gi mukwanira wala." }, { "english": "Now profit comes not through the broad delivery of common information.", "luganda": "Kati amagoba tegava mu kusaasaanya bubaka." }, { "english": "The result is an attack on the model of shared information.", "luganda": "Kati olutalo luva ku ngeri obubaka gye busaasaanyizibwa." }, { "english": "Radio and television are broadcasting from a single source.", "luganda": "Laadiyo ne terefayina zonna ziweerereza kuva ku mukutu gumu." }, { "english": "Broadcasting changed the nature of communications.", "luganda": "Empeereza y'emikutu yakyuusa engeri y'empuliziganya." }, { "english": "The image of a family huddling around the radio Facebook Chairperson.", "luganda": "Ekyo ky'ekifaananyi eky'amaka okukungaanira ku facebook" }, { "english": "Can the two coexist given that shared not targeted is necessary?", "luganda": "Ebbiri zisobola okukolera awamu naddala nga okugabana ebigendererwa tekyetaagisa?" }, { "english": "Cable television is narrowcasting.", "luganda": "Terefayina ez'oku mutimbagano zikendeezezza empeereza." }, { "english": "To differentiate themselves on this newsstand cable news channels developed an attitude.", "luganda": "Okweyawula mu byamawulire emikutu egiweerereza kumutimbagano gyatondawo embeera eyagyo." }, { "english": "Narrowcasting was driven by conflict and disagreement.", "luganda": "Okussa wansi empeereza kwasinziira ku kulumangana n'obutakkiriziganya." }, { "english": "Social media is target casting.", "luganda": "Emikutu gimukwanirawala gisinziira ku bantu bamu." }, { "english": "They then sell advertisers the ability to reach those groups.", "luganda": "Kati awo ne batunza abalanzi obusobozi obwokutuuka eri ebibiina ebyo." }, { "english": "Target Casting companies make money the opposite way.", "luganda": "Kkampuni ezirondobamu byeziweereza zikola ssente mu ngeri endala okuva mu baweereza eri abangi n'abo abalondamu bebaweereza." }, { "english": "Instead of selling reach out to a wider audience.", "luganda": "Mukifo ky'okutunda tuukirira abawuliriza abawera." }, { "english": "An even greater differentiator between traditional media and social media", "luganda": "Kye kisingira naddala okwawula wakati w'emikutu gino egyabulijjo n'omutimbagano." }, { "english": "Such a secret targeting tears at the fabric of democracy.", "luganda": "Enkola eyo eyokulondobamu mu kyama eyuzaamu enkola ya demokolasiya." }, { "english": "The Founding Fathers made \"out of many ones\" the national motto.", "luganda": "Abasajja abaasooka baalonda mu nyingi nebafuna engombo y'eggwanga." }, { "english": "They began the constitution with the collective \"We the people\".", "luganda": "Baatandika ssemateeka n'ekigambo ekigatta nti ffe abantu." }, { "english": "To become \"We\" requires a suspension of human nature's tribal instincts.", "luganda": "Okufuuka ffe kyetaagisa okwesonyiwa embeera y'okwessa ku mawanga." }, { "english": "Such a belief is predicated in part on shared information.", "luganda": "Endowooza bwetyo esuubirwa mu bubaka obugabaniddwa." }, { "english": "Coming together in an environment of shared information.", "luganda": "Okukwatira awamu mu mbeera ey'obubaka obugabaniddwa." }, { "english": "When algorithms of social media follow the money, they undermine the communal \"We\".", "luganda": "Ebibalo eby'emikutu gimukwanirawala bwe gigoberera ensimbi gyesonyiwa ekigambo ffe." }, { "english": "They gnaw away at the heart of \"We the people\" balance and transparency.", "luganda": "Beeraliikirira nnyo ku mitima gyabwe ku \" ffe abantu\", obwenkanya n'obwerufu." }, { "english": "Congress acted to assure conflicting ideas had access to the airwaves.", "luganda": "Olukiiko lwakakasizza nti ebigambo ebiyitingana bijja kukomekerera ku mpeewo z'amawulire." }, { "english": "Following World War two's example of radio being used to manipulate the German population.", "luganda": "Okugoberera eky'okulabirako kya laadiyo ebbiri mu ssematalo owokubiri ezaakozesebwa okubuzaabuza Abagirimaani." }, { "english": "Assuring the widest possible dissemination of political viewpoints.", "luganda": "Okukasa obugazi bw'obusobozi bw'obubaka bw'ebyobufuzi okutuuka ku bantu." }, { "english": "Cable television came along expanding rapidly in the seventies and eighties.", "luganda": "Terefayina zokusasulira zaatuukira mu mujjiraano mu gyensaanvu n'egyekinaana." }, { "english": "What's more because cable channels did not use the public's airwaves.", "luganda": "Ekisinga obukulu emikutu egy'okusasulira gyali tegikozesa mayengo ga mpuliziganya." }, { "english": "The ability to change the channel to discover a different point of view.", "luganda": "Obusobozi okukyuusa omukutu okuzuula ensonga ez'enjawulo." }, { "english": "The algorithms of social media do not provide such an open opportunity.", "luganda": "Amagezi ag'emikutu gimukwanirawala tegireeta mikisa mirambulukufu." }, { "english": "There is no channel dial to turn for another opinion.", "luganda": "Tewali kakyuusa mukutu okufuna endowooza endala." }, { "english": "This is because of the network effects enjoyed by social media.", "luganda": "Kino kiriwo lwa bulungi bw'amayengo agakwasaganya emikutu gimukwanirawala." }, { "english": "Once locked into this network the algorithms then do their target casting in secret.", "luganda": "Kasita oyingira mu nkola eno olwo nga abagezi bakola ogwabwe ogw'okunoonya ekiti kyebaweereza mu kyama." }, { "english": "The Federal Communication Commission requires that all broadcast advertising declare who is paying it.", "luganda": "Ekitongole eky'ebyempuliziganya kyeetaaga ebirango byonna eby'okumpewo bitegeerwe ani abisasulira." }, { "english": "We can choose among print publications as well as broadcast for different editorial positions.", "luganda": "Tusobola okulondako ku mpapula wamu n'empewo ku bifo eby'okusunsula eby'enjawulo." }, { "english": "The editorial position of traditional media is openly obvious simply by reading or watching.", "luganda": "Ebifo eby'okusunsula byangu okutegeera mu mpapula eza bulijjo nga osomye busomi oba okulaba." }, { "english": "Such secrecy and closed control of information options inherently work at cross purposes.", "luganda": "Obwama obwo n'okukugira obubaka byonna bikontana." }, { "english": "A lie can get halfway around the world before the truth gets its boots on.", "luganda": "Obulimba busobola okudduka ensi yonna nga amazima tegalinaako wegaatuuse." }, { "english": "Targeted data circles the world at lightning speed.", "luganda": "Obubaka obugendereddwa budduka ku misinde gya kizungirizi." }, { "english": "A world of misinformation disinformation and misinformation is thus aided.", "luganda": "Obubaka obutali butuufu era nga bwabulimba awo nebuyambibwako." }, { "english": "What do we do now?", "luganda": "Kiki kyetuba tukola Kati?" }, { "english": "The result was a surge in right-wing talk radio.", "luganda": "Ekyavaamu kwali kuzimba kwa mukono ogwa ddyo ogwa laadiyo eyogera." }, { "english": "Today Democratic Federal Communications Commission nominees go through the confirmation process.", "luganda": "Leero abesimbyewo ku kakiiko k'ebyempuliziganya ebyetongodde bayita mu kakungunta." }, { "english": "Currently however Republicans also seem focused on the allegations.", "luganda": "Saawa eno n'abawagizi b'ebyokulonda nabo balabikanga abatunuulidde ebyogerwa." }, { "english": "President Trump has even threatened to instruct the Federal Communications Commission.", "luganda": "Pulezidenti Trump atiisizatiisiza okulagira ekitongole kyebyempuliziganya." }, { "english": "First Amendment protections against government interference of course are predominant in any situation.", "luganda": "Etteeka erisooka liziyiza gavumenti okwenyigira mu bintu nga ebyo." }, { "english": "The broadcast rule was held by the supreme court.", "luganda": "Etteeka ery'okuweereza lyateekebwa Kkooti enkulu." }, { "english": "But that does not mean other alternatives aren't available.", "luganda": "Naye ekyo tekitegeeza nti enkola endala teziriiwo." }, { "english": "Disclosing who pays for the message is one alternative.", "luganda": "Okwanja ani asasulira obubaka yemu ku ngeri." }, { "english": "Senators have proposed legislation to require disclosure of the sponsor of social media advertisements.", "luganda": "Abatuula ku lukiiko olukulu bateesezza amateeka okwetaagisa obwerufu bw'abawagira okulangira ku mikutu gi mukwanirawala." }, { "english": "It has gone nowhere in the senate.", "luganda": "Tekirina wekituuse ku lukiiko." }, { "english": "I have previously proposed removing the secrecy through a Public Interest.", "luganda": "Emabega nateesa okuggyawo okubikirira nga tuyita mu kulonda kwa bonna." }, { "english": "We have a long way to go on this issue.", "luganda": "Tulina olugendo luwanvu ku nsonga eno." }, { "english": "I understand the concerns about how tech platforms have centralized power.", "luganda": "Ntegeera okutya ku ngeri emikutu gy'ebya tekinologiya gye gitereezamu obukulembeze." }, { "english": "Social media has indeed changed the way people create information.", "luganda": "Emikutu gimukwanirawala gikyusirizza ddala engeri abantu gye bakolamu obubaka." }, { "english": "But platforms such as Facebook have also changed how people consume content.", "luganda": "Naye emikutu nga facebook gikyuusizza engeri abantu gye bafunamu obubaka." }, { "english": "Openness and transparency must come to social media", "luganda": "Obwerufu n'amazima birina okubeera ku mikutu gimukwanira wala." }, { "english": "Target casting should not destroy foundational elements of our democracy", "luganda": "Okulondobamu ekiti ekiweerezebwa tekirina kwonoona musingi gwa demokolasiya." }, { "english": "Tom Wheeler is Visiting Fellow -Governance Studies Center for Technology Innovation", "luganda": "Tom Wheeler akyalira basomi banne ab'ebyobufuzi ku kitebe kya tekinologiya n'obuyiiya." }, { "english": "Talking about young Africans using smartphones.", "luganda": "Twogera ku baana ba Afirika okukozesa amasimu agali ku mutimbagano." }, { "english": "Social Media takes pride of place in that description despite their murkier side.", "luganda": "Emikutu gimukwanirawala gyenyumiriza mu kifo ekyo newankubadde girina oludda olutali lwerufu." }, { "english": "What has perhaps been overlooked?", "luganda": "Kiki ekibuusiddwa amaaso?" }, { "english": "One area is the ever-growing community of sports betting in Africa.", "luganda": "Ekimu ku bitundu ebikulaakulana buli lunaku mu Afirika ye zaala w'emipiira." }, { "english": "The phenomenon of sports betting among African youths has taken the region by storm.", "luganda": "Enkola eya zaala w'ebyemizannyo mu bavubuka abafirika yefuze ssemazinga nga omuyaga." }, { "english": "Recent polls and anecdotal reports point to a grim scenario especially in Sub-Saharan Africa.", "luganda": "Okulonda okwakaggwa n'ebyavaamu ebikyamu bisonga ku mbeera emu naddala mu maserengeta ga Afirika." }, { "english": "African youths between seventeen and thirty-five years have engaged in sports gambling.", "luganda": "Abavubuka Abafirika wakati w'emyaka kkumi na musanvu n'asatu mu etaano beenyigidde mu zaala w'ebyemizannyo." }, { "english": "Kenya with seventy-four percent participation in sports betting.", "luganda": "Kenya erina ebitundu nsanvu mu bina ku buli kikumi nga benyigira mu zaala w'ebyemizannyo." }, { "english": "The Survey of some two thousand seven hundred twenty-six African millennials was conducted.", "luganda": "Okunoonyereza ku bantu enkumi bbiri mu lusanvu mu abiri mu mukaaga ku bafirika abaazaalibwa mu kyasa ky'enkumi ebbiri kwakolebwa." }, { "english": "A core driver of this trend has been the growing ubiquity of mobile telephony.", "luganda": "Ekisinze okuleetera omuze guno okukula kwekusaasaana kw'amasimu ga buli wendi nkufuna." }, { "english": "Added to this has been greater connectivity including satellite access to sports matches.", "luganda": "Okweyunga kuno kibadde kukwasaganya kw'amaanyi okuli n'okukozesa ebisowaani mu bwengula okusobola okufuna emipiira egisambibwa." }, { "english": "Sports betting has brought many ills to young people in Sub-Saharan Africa.", "luganda": "Zaala w'ebyemizannyo aleetedde abavubuka bangi obuzibu mu maserengeta ga Afirika." }, { "english": "For an external and independent oversight.", "luganda": "Okunoonyereza okuli ebweru nga kwetongodde." }, { "english": "There are deaths and serious injuries caused by police.", "luganda": "Bangi bafudde n'abalala ne bafuna ebisago eby'amaanyi nga bireeteddwa poliisi." }, { "english": "The oversight bodies ensure those police officers are monitored in their everyday affairs.", "luganda": "Ebitongole ebirabira ebweru bikakasa nti boffiisa ba poliisi bagobererwa mu mirimu gyabwe egya bulijjo." }, { "english": "These initiatives include; police officer vetting and the revamping of a community policing program.", "luganda": "Ebigendererwa bino birimu okusengejja boffiisa n'okuzza obujja enkola ya poliisi zi bbuna byaalo." }, { "english": "The Police Reform Working Group supported many of these attempts at police reform.", "luganda": "Ekiti ekikola ku kukyusa poliisi bawangudde ezisinga ku nkola ez'okutereeza poliisi." }, { "english": "Several police officers said they were scared to speak out for fear of repercussions.", "luganda": "Bofiisa abasinga baagambye nti baatidde okwogera nga batya ebiyinza okuddirira." }, { "english": "It can result in being transferred to a hardship area.", "luganda": "Kyandiviirako okusindikibwa mu kitundu ekibi." }, { "english": "Police officers often cover for each other when involved in crime.", "luganda": "Abapoliisi babikirira bannaabwe kasita babeera nga beenyigidde mu musango." }, { "english": "From the level of top leadership to the constable stationed at the charge office.", "luganda": "Okuva ku daala ery'obukulembeze obwewaggulu okuddizibwa ku kapoliisi akewansi." }, { "english": "It is being enforced by both oversight bodies.", "luganda": "Kikubirizibwa ebitongole ebibiri ebirondoola." }, { "english": "It essentially demands inspirational leadership that penalizes misconduct and sends a signal to all officers.", "luganda": "Kiba kyetaagisa obukulembeze obulabibwako nga bubonereza enneyisa embi olwo abalala balabire okwo." }, { "english": "The conversation by Tom Wheeler Speaking recently at Georgetown University.", "luganda": "Emboozi ya Tom Wheeler nga ayogera ku Ssetendekero wa Georgetown gye buvuddeko." }, { "english": "He added that it has always been necessary to build a more inclusive society.", "luganda": "Yagasseeko nti kibadde nga kyetaagisa okuzimba ekifo ekizimbiramu bonna." }, { "english": "People no longer rely on traditional gatekeepers to make their voices heard.", "luganda": "Abantu tebakyesigama ku bakuumi ba zi wankaaki okuyisaamu amaloboozi gaabwe." }, { "english": "The economic incentive has worked to bring people together.", "luganda": "Kasendabaguzi ow'ensimbi ayambye okuleeta obumu mu bantu." }, { "english": "At least attempting a balanced presentation of the facts.", "luganda": "Waakiri okugezaako okuweereza amazima aga buli luuyi." }, { "english": "The economic model of maximizing revenue by maximizing reach is still governed.", "luganda": "Enkola mu byenfuna eyokukozesa obulungi omusolo nga weeyambisa okutuuka ewala ekyeyambisibwa." }, { "english": "Social media algorithms have extinguished the traditional economic model.", "luganda": "Amateeka g'emikutu gimukwanirawala gamazeewo enkola y'ebyenfuna eyagobererwa edda." }, { "english": "The profit comes from the targeted delivery of selected information.", "luganda": "Amagoba gava mu kutuusa obubaka obutegekeddwa." }, { "english": "It is necessary for a democracy to function.", "luganda": "Kisoboka demokulasiya okukola." }, { "english": "Radio and television deliver to the widest possible audience.", "luganda": "Laadiyo ne terefayina ziweereza eri abantu abasinga obungi." }, { "english": "Communications changed from after-the-fact newspapers to the wide distribution of real-time information.", "luganda": "Eby'empuliziganya byakyuka olw'okuba empapula z'amawulire zituusa obubaka wala." }, { "english": "Mark Zuckerberg addresses the audience on the challenges of protecting free speech.", "luganda": "Mark zuckerberg ayogera eri abawuliriza ku buzibu mu kukuuma okweyogerera nga kwabwereere." }, { "english": "Is targeted information necessary for democracy to function?", "luganda": "Okulondamu obubondo kigasa demokulasiya okukola?" }, { "english": "Cable is like a video newsstand with many titles from which to choose.", "luganda": "Dikooda eringa vidiyo y'amawulire nga erina bingi byeraga ebisobola okulondebwamu." }, { "english": "The revenue-maximizing goal was still the same as broadcasters.", "luganda": "Engeri y'okufunamu ensimbi yabadde yemu n'abaweereza." }, { "english": "Software algorithms are owned by social media platforms.", "luganda": "Amateeka g'ebikozesebwa gafugibwa mikutu gi mukwanirawala." }, { "english": "They charge a premium to target a small but specifically defined group.", "luganda": "Basaba akasente nga balina ekiti ky'abantu kye baagala." }, { "english": "Target casting is available only to a specific audience.", "luganda": "Okulondobamu abaweerezebwa kusoboka ku kiti ky'abantu ekigere." }, { "english": "Such a coming together the Founders realized", "luganda": "Abatandisi baakizudde nti balina okukwatagana." }, { "english": "An information commons- is a key component of moving from tribes to the larger Unum.", "luganda": "Awakuumibwa obubaka obufulumizibwa wakulu nnyo mu kutambula okuva ku ggwanga okudda ku kintu ekyetongodde." }, { "english": "The algorithms keep users online for as long as possible maximizing ad sales.", "luganda": "Ebigobererwa bikuumira abantu ku mukutu okumala ekiseera ekinene nga bwe baweza obulango." }, { "english": "There was a concern that broadcasting could be captured to become an anti-democratic force.", "luganda": "Waaliwo okweraliikirira nti okuweereza kuyinza okukwatibwa nekufuulibwa okulwanyisa ebya demokulasiya." }, { "english": "The Federal Communications Commission used its congressionally delegated authority to impose Fairness Doctrine rules.", "luganda": "Ekitongole eky'ebyempuliziganya kyakozesezza omuwendo ogw'ababaka okuteekesa obwenkanya n'amateeka." }, { "english": "Television providers could target specific interests with specialized channels.", "luganda": "Abaweereza ba terefayina basobola okubeera n'ebigendererwa eby'enjawulo mu mikutu emirondemu." }, { "english": "The airwaves weren't subject to balance requirements set by the Federal Communication Commission's rules.", "luganda": "Amayengo g'empuliziganya tegaabadde nabisaanyizo kugoberera mateeka ga kitongole kya byampuliziganya." }, { "english": "The ability to change the channel remained freely available.", "luganda": "Obusobozi okukyusa emikutu kwasigala kwabwereere era nga kusoboka." }, { "english": "An open opportunity to find differing points of view.", "luganda": "Omukisa omuggule okufuna ebirowoozo eby'enjawulo." }, { "english": "We go to the social media sites with the most users.", "luganda": "Tugenda ku mikutu egirina abantu abangi." }, { "english": "It also promotes the propagation of questionable information.", "luganda": "Kireetera okuyitimuka kw'okubuuza ku bubaka." }, { "english": "The speed of twenty-first-century information dissemination makes this maxim quaint.", "luganda": "Obwangu bw'okusaasaana kw'obubaka bw'ekyasa eky'abiri mu ekimu kifuula kino ekikadde." }, { "english": "Misinformation is aided by corporate algorithms programmed to maximize profit instead of open information.", "luganda": "Obubaka obukyamu buyambibwako enkola z'amakampuni ezigenderera okuweza amagoba okusinga okulekera abantu obubaka." }, { "english": "The Federal Communications Commission's Fairness Doctrine was eliminated during the Reagan administration.", "luganda": "Etteeka ery'ekitongole eky'ebyempuliziganya ekkade lyasuulibwa mu bukulembeze bwa Reagan." }, { "english": "Republican members of the Senate still try to extract a commitment to not reinstate.", "luganda": "Abalipabulikani mu lukiiko era bakyayagala okufuna obukakafu obw'obutakomyawo." }, { "english": "The allegations are on the left-leaning information choices made by social media platforms.", "luganda": "Ebyogerwa byesigama ku bubaka obusalibwawo ku mikutu gimukwanirawala." }, { "english": "The Federal Trade Commission is to investigate the editorial decisions of the social media companies.", "luganda": "Ekitongole eky'ebyempuliziganya kyakunoonyereza ku kusalawo kw'abasunsuzi ba kkampuni z'emikutu gimukwanirawala." }, { "english": "It was the public's airwaves.", "luganda": "Gaali mayengo g'abantu bonna." }, { "english": "What is going into and out of social media algorithms?", "luganda": "Biki ebiyingira n'okufuluma mu bigobererwa ku mikutu gimukwanirawala." }, { "english": "Perhaps Mr. Zuckerberg's speech gets the final word at this point.", "luganda": "Oba olyawo ebigambo bya Zukerberg bitegeeza kino." }, { "english": "I believe the much bigger story is how much these platforms have decentralized power.", "luganda": "Nze ndowooza kale ekikulu kwe kuba nti emikutu gino gitereezezza obukulembeze okuva ku asooka paka ku asembayo." }, { "english": "Corporate algorithms are now the \"centralized power\" in control of that consumption.", "luganda": "Amateeka ga kKampuni ezetongodde Kati zikabaka mu kufuga enkwata ya bino." }, { "english": "The dominant narrative is that these gadgets serve mostly as platforms for connection.", "luganda": "Ebyogerebwa okusinga biri nti ebyuma bikola nga entindiro z'emiyungiro." }, { "english": "Smartphones are also affecting other facets of young people's lives.", "luganda": "Amasimu agali ku mutimbagano gakyusizza obulamu bw'abaana." }, { "english": "Kenya had by far the largest percentage of youth involvement in this activity.", "luganda": "Kenya yalina omuwendo gw'abavubuka ogusinga obungi abenyigira mu bikolwa bino." }, { "english": "The survey was conducted in Ghana Kenya Nigeria South Africa Tanzania", "luganda": "Okunoonyereza kwakolebwa mu Ghana Kenya Nigeria South Afirika Tanzania ne Uganda." }, { "english": "Around the continent combined with the availability of smartphones.", "luganda": "Okwetooloola ssemazinga kwogatta n'okubuna kw'amasimu." }, { "english": "There is a ballooning population of young people with high levels of unemployment.", "luganda": "Buli lukya omuwendo gw'abavubuka abatalina mirimu gweyongera." }, { "english": "The authority conducts inspections of police premises.", "luganda": "Ekitongole kikola okubuuliriza ku maka ga poliisi." }, { "english": "Mark Zuckerberg is focused on giving people a voice and bringing people together.", "luganda": "Mark zuckerberg agenderera kuwa bantu ddoboozi nakubaleeta wamu." }, { "english": "Since the time of the early advertising-supported newspapers.", "luganda": "Okuva edda okulanga ebyamaguzi kuwaniridde empapula z'amawulire." }, { "english": "A forum was hosted by Georgetown University's institute at Politics and Public Service.", "luganda": "Olukiiko lwategekeddwa Ssetendekero wa Georgetown ku byobufuzi n'empeereza y'abantu." }, { "english": "The revenue-maximizing goal was to reach the largest audience possible.", "luganda": "Ekigendererwa ky'okusoolooza kwali kutuukirira muwendo munene nga bwekisoboka." }, { "english": "How users behave online and use that data to categorize them into specific groups.", "luganda": "Engeri abantu gye beyisaamu ku mukutu ne bakozesa ebizuuliddwa okubaawulamu ebibinja." }, { "english": "The Founders realized it was essential for their experiment in democracy to function.", "luganda": "Abatandisi baakizuula nti kyali kikulu ku lw'enkola ya demokulasiya okukola." }, { "english": "When the communal \"We\" is undermined they deliver different information to tribes in secret.", "luganda": "Kasita ekigambo kya bonna kinyoomebwa bafulumya bubaka bwanjawulo mu kyama eri ebika." }, { "english": "Broadcasting began in the twenties and thirties", "luganda": "Okuweereza kwatandika mu myaka gy'abiri n'asatu." }, { "english": "The Fairness Doctrine rules were imposed on broadcasters requiring the airing of all sides.", "luganda": "Etteeka ery'obwenkanya lyakakaatibwa ku baweereza nga lyeetaaga obuteekubiira." }, { "english": "On the social media sites with most users that's where our friends are.", "luganda": "Ku mikutu gimugattabantu egisinza abagoberezi eyo mikwano gyaffe gyegiri." }, { "english": "The public had a right to assure they weren't misused.", "luganda": "Abantu baalina olukusa okukakasa nti tebabyeyambisa bubi." }, { "english": "These platforms are putting decentralized power directly into people's hands.", "luganda": "Emikutu gino giteeka amaanyi g'obukulembeze mu mikono gy'abantu." }, { "english": "Users can communicate and share greetings and information via text messages.", "luganda": "Abagikozesa basobola okwogerezeganya nokubuzaganya nga beewandiikira mu mesegi." }, { "english": "Burkina Faso led with a fifty-two percent increase.", "luganda": "Burkina Faso yakulembera n'okweyongera kw'obutundu ataano mu bubiri ku buli kikumi" }, { "english": "Uganda was number fourteen with a seventeen percent increase.", "luganda": "Uganda yali ya nnamba kkumi na nnya n'okweyongera kw'obutundu kkumi na musanvu ku buli kikumi." }, { "english": "South Sudan spent more in two thousand eighteen compared to two thousand seventeen.", "luganda": "South Sudan yasaasaanya nnyo mu nkumi bbiri mu kkumi na munaana bw'ogeraageranya ne nkumi bbiri kkumi na musanvu." }, { "english": "These figures in the year two thousand seventeen were picked from data by the Stockholm International Peace Research Institute.", "luganda": "Emiwendo gino gyaggyiba Stockholm International Peace Research Institute okuva mu bibalo mu mwaka gwa nkumi bbiri mu kkumi na musanvu." }, { "english": "Generally military expenditure in Africa fell by eight percent.", "luganda": "Okutwaliza awamu ensaasaanya y'amagye mu Afirika yakka ebitundu munaana ku buli kikumi." }, { "english": "According to Stockholm International Peace Research Institute African governments spend on their military armies.", "luganda": "Okusinziira ku Stockholm International Peace Research Institute gavumenti za Afirika zisaasaanya ku magye gaazo." }, { "english": "The post-cold war peak reached two thousand fourteen.", "luganda": "Entikko y'olutalo olutaalimu kulwanagana yatuuka mu nkumi bbiri mu kkumi n'ena." }, { "english": "Military expenditure in Africa was still nine and two percent.", "luganda": "Ensaasaanya y'amagye mu Afirika yali ekyali mwenda n'obutundu bubiri ku buli kikumi." }, { "english": "According to Stockholm International Peace Research Institute military expenditure does not reflect military capability.", "luganda": "Okusinziira ku Stockholm International Peace Institute okusaasaanya ku magye tekweyolekera mu busobozi bw'amagye." }, { "english": "Tension in Great Lakes Region countries mainly; Uganda Rwanda Burundi and the Democratic Republic of Congo.", "luganda": "Obunkenke mu mawanga agali mu East Afirikan Rift okusingira ddala Uganda Rwanda ne Democratic Republic of Congo." }, { "english": "Rwandan President Paul Kagame spoke strongly about people trying to destabilize Rwanda.", "luganda": "Pulezidenti wa Rwanda Paul Kagame yayogedde n'amaanyi ku bantu abagezaako okutabangula Rwanda." }, { "english": "He said those backed by foreign forces will pay heavily for their actions.", "luganda": "Yagambye abo abawagirwa amawanga g'ebweru bajja kusasulira nnyo ebikolwa byabwe." }, { "english": "Kagame promised to raise the cost on anybody who wants to destabilize our security.", "luganda": "Kagame yasuubizza okwongeza ebisale ku oyo yenna ayagala okutabangula ebyokwerinda byaffe." }, { "english": "On the fifteenth of November rebel leader Musabimana Juvenal was killed in a security operation in Rutshuru.", "luganda": "Nga kkumi na ttaano Ogw'ekkumi n'ogumu omukulembeze w'abayeekera Musabimana Juvenal yattibwa mu kikwekweto ky'ebyokwerinda mu Rutshuru." }, { "english": "Rwanda Special Forces are jointly deployed with the Democratic Republic Army.", "luganda": "Amagye ga Rwanda agakuuma Pulezidenti gayiiriddwa wamu n'aga Democratic Republic." }, { "english": "Uganda asked to join them in operations on the twenty-fifth of October but Beni declined.", "luganda": "Uganda yasaba okubeegattako mu bikwekweto nga abiri mu ttaano Ogwekkumi naye Beni n'agaana." }, { "english": "Instead Uganda said it would secure its border against militia forces.", "luganda": "Wabula Uganda yagambye nti ejja kukuuma ensalo zaayo okwewala obulumbaganyi bw'amagye." }, { "english": "On November seventeenth in eastern Rwanda Burundian soldiers were hit in a night attack.", "luganda": "Nga kkumi na musanvu Ogwekkumi n'ogumu mu buvanjuba bwa Rwanda abajaasi ba Burundi baakubibwa mu bulumbaganyi bw'ekiro." }, { "english": "Burundi's Ministry of Defense published reports on the attack that killed eight Burundian soldiers.", "luganda": "Minisitule y'ebyokwerinda mu Burundi yafulumya alipoota ku bulumbaganyi obwatta abajaasi ba Burundi munaana." }, { "english": "The company is said to have had ninety soldiers.", "luganda": "Kkampuni egambibwa okuba nga yalina abajaasi kyenda." }, { "english": "As many were injured the rest fled in confusion.", "luganda": "Abasinga bwe baakosebwa abalala baafuna okutabulwa." }, { "english": "Military sources quoted that it was one of the largest and deadliest attacks.", "luganda": "Ensonda z'amagye zaagambye bwali bumu ku bulumbaganyi obukyasinze obunene era obw'obulabe." }, { "english": "Informed sources described how the assailants pounced on Burundian soldiers on Mount Twinyoni.", "luganda": "Ensonda enneekusifu zanyonnyodde engeri abatujju gye baazinduukirizzaamu abajaasi ba Burundi ku lusozi Twinyoni." }, { "english": "Initial reports said that the attackers retreated in Rwanda.", "luganda": "Alipoota ezaasoose zaagambye nti abalumbaganyi baddukidde mu Rwanda." }, { "english": "Burundi accuses Rwanda of backing rebels opposed to the Bujumbura government", "luganda": "Burundi erumiriza Rwanda okubeera emabega w'abayeekera abawakanya gavumenti ya Bujumbura." }, { "english": "It is not true that the attacks were made by people who came from Rwanda.", "luganda": "Si kituufu nti obulumbaganyi bwakolebwa bantu abaava mu Rwanda" }, { "english": "We have other things to do.", "luganda": "Tulina ebintu ebirala eby'okukola." }, { "english": "On November tenth two alleged Ugandan smugglers of tobacco into Rwanda were shot dead.", "luganda": "Nga kkumi Ogwekkumi na gumu bannayuganda babiri abaateberezebwa okukusa taaba mu Rwanda baakubibwa amasasi ne bafa." }, { "english": "On November nineteenth unknown attackers killed at least nineteen people in Beni.", "luganda": "Nga kkumi na mwenda Ogwekkumi n'ogumu abalumbaganyi abatamanyiddwa batta ekitono ennyo abantu kkumi na mwenda mu Beni." }, { "english": "This area lies just over the Rwenzori mountain from the Uganda border.", "luganda": "Ekitundu kino kiri kumpi ddala n'olusozi Rwenzori okuva ku nsalo ya Uganda." }, { "english": "Beni is the base of the United Nations stabilization mission in the Democratic Republic of Congo.", "luganda": "Beni kye kitebe kya United Nations stabilisation mission mu Democratic Republic of Congo." }, { "english": "The attackers reportedly kidnapped many people", "luganda": "Abalumbaganyi kyagambibwa baawamba abantu bangi." }, { "english": "There were peaceful protests in Sudan in December two thousand nineteen.", "luganda": "Alipoota ezaasooka ku bulumbaganyi bwa kkumi na mwenda Ogwekkumi na gumu zaagamba abassi baali ba kabinja ka bamukwatammundu abasiraamu." }, { "english": "According to Analysts these incidents were on Rwanda's borders with the Democratic Republic of Congo.", "luganda": "Okusinziira ku beekenneenyi bino ebiriwo ku nsalo za Rwanda ne Democratic Republic Congo." }, { "english": "Some analysts say regional leaders are building their armies and firepower for armed clashes.", "luganda": "Abeekenneenyi abamu bagamba nti abakulembeze b'ebitundu bazimba amagye gaabwe n'ebyokulwanyisa nga beetegekera entalo." }, { "english": "Russia has been the biggest beneficiary in shipping arms to these countries.", "luganda": "Russia y'esinze okuganyulwa mu kutambuza ebyokulwanisa eri ensi zino." }, { "english": "This October forty African heads of state and their delegations descended on Russian Black Sea city.", "luganda": "Mu Gwekkumi guno Bapulezidenti ba Afirika ana n'abakiise baabwe baalumba Russian Black Sea City." }, { "english": "Russian President Vladimir Putin and other Russian officials met with African leaders.", "luganda": "Pulezidenti wa Russia Vladimir Putin n'abakungu ba Russia abalala baasisinkana n'abakulembeze ba Afirika." }, { "english": "Russia had laid out the military hardware favored by African countries.", "luganda": "Russia yali emaze okuwaayo ebyokulwanisa eri amawanga ga Afirika." }, { "english": "Ethiopian Prime Minister Abiy Ahmed was photographed pensively eyeing model tanks.", "luganda": "Ssaabaminisita wa Ethiopia Abiy Ahmed yakubibwa ekifaananyi nga yeefumiitiriza atunuulira ttanka." }, { "english": "Russia is the second-largest supplier of arms in the world.", "luganda": "Russia ekwata kyakubiri mu nsi yonna mu kutunda ebyokulwanisa." }, { "english": "Nigeria reportedly bought twelve helicopters and a deal for training and other equipment.", "luganda": "Nigeria yagambibwa okugula ennyonyi nnamunkanga kkumi na bbiri n'entegeeragana y'okutendeka wamu n'ebikozesebwa ebirala." }, { "english": "Between two thousand thirteen and two thousand seventeen Chinese arms sales increased.", "luganda": "Wakati wa nkumi bbiri mu kkumi n'esatu ne nkumi bbiri mu kkumi na musanvu ebyokulwanisa bya China byeyongera ettunzi." }, { "english": "Chinese arms are picking up because they are easy to operate effective and cheap.", "luganda": "Ebyokulwanyisa bya China byeyongera okwettanirwa kubanga byangu okukozesa bikola bulungi era bya ssente nsaamusaamu." }, { "english": "Stockholm International Peace Research Institute Arms Transfer Database shows that Uganda purchases equipment from Russia.", "luganda": "Etterekero ly'emiwendo erya Stockholm International Peace Research Institute liraga nti Uganda egula ebyokulwanyisa okuva e Russia." }, { "english": "That is when it got the six famous aircraft in a deal with accessories.", "luganda": "Bwetyo bwe yasobola okufuna ennyonyi z'ettuttumu mukaaga n'entegeeragana ku bintu ebizikola." }, { "english": "It also bought Infantry Fighting Vehicles and forty-four tanks.", "luganda": "Era yagula emmotoka ennwanyi ne ttanka ana mu nnya." }, { "english": "These assets have given Uganda superior air power compared to Rwanda Burundi Tanzania and others.", "luganda": "Ebintu bino biwadde Uganda ebyokulwanyisa eby'omu bbanga eby'amaanyi bw'ogigeraageranya ku Rwanda Burundi Tanzania n'endala." }, { "english": "Only Kenya boasts more air firepower.", "luganda": "Kenya yokka yeegisinga ebyokulwanyisa eby'omu bbanga eby'omulembe." }, { "english": "On November seventh President Museveni graduated eighteen Ugandan Air Force pilot cadets.", "luganda": "Nga musanvu Ogwekkumi na gumu Pulezidenti Museveni yatikkira abavuzi b'ennyonyi z'amagye kkumi na munaana abali ku ddaala erisooka." }, { "english": "The base has new training facilities equipment and aircraft.", "luganda": "Enkambi erina ebikozesebwa mu kutendeka ebipya ebyuma n'ennyonyi." }, { "english": "The ceremony featured flight demonstrations with Cessna piston trainers and jets from Bulgaria.", "luganda": "Omukolo gwaliko okw'olesa ennyonyi n'abatendesi ba Cessna piston n'ennyonyi okuva e Bulgaria." }, { "english": "Rwanda has made most of its military orders from Russia Israel Turkey and China.", "luganda": "Rwanda esinze kulagiriza ebyokulwanisa byayo ebisinga okuva e Russia Israel Turkey ne China." }, { "english": "Rwanda purchased fifty Red Arrow tank missiles from China were received in twenty-eighteen.", "luganda": "Red Arrow tank missiles ataano Rwanda ze yagula e China yazifuna mu nkumi bbiri mu kkumi na munaana." }, { "english": "Rwanda was the first foreign armed force equipped with China's Red Arrow anti-tank missiles.", "luganda": "Rwanda y'ensi y'ebweru eyasooka okufuna ebyokulwanyisa bya China ebya Red Arrow anti-tank missiles." }, { "english": "In twenty seventeen it got thirty Cobra Armored Protected Vehicles from Turkey.", "luganda": "Mu nkumi bbiri mu kkumi na musanvu yafuna emmotoka za Cobra ezitayitamu masasi okuva e Turkey." }, { "english": "Rwanda has Russian helicopters Ural vehicles small arms and Air Defense Systems.", "luganda": "Rwanda erina ennyonyi za Russia zi nnamunkanga emmotoka za Ural emmundu entono n'ennyonyi ennwanyi." }, { "english": "The two agreed military and technical cooperation in two thousand seventeen.", "luganda": "Ababiri bakkaanya okukolagana mu by'amagye mu nkumi bbiri mu kkumi na musanvu." }, { "english": "But Rwanda is equally receptive to the Chinese.", "luganda": "Naye kumpi Rwanda eyaniriza Abakyayina." }, { "english": "The military parade celebrating Rwanda's twenty-fifth Liberation Day in August.", "luganda": "Ennyiriri z'amagye ezijaguza ameenunula ga Rwanda ag'abiri mu etaano mu gwomunaana." }, { "english": "The data indicate that military expenditure in Rwanda increased by two thousand eighteen.", "luganda": "Ebibalo biraga nti ensaasaanya ku by'okulwanyisa mu Rwanda yeeyongera mu nkumi bbiri mu kkumi na munaana." }, { "english": "Rwanda's highest expenditure was one hundred fifty-eight million dollars in nineteen ninety-one.", "luganda": "Ensaasaanya ya Rwanda ekyasinze yali ya bukadde bwa ddoola kikumi ataano mu munaana mu lukumi mu lwenda kyenda mu gumu." }, { "english": "Burundi also boasts some Russian Arms.", "luganda": "Burundi nayo yeewanyisa ebyokulwanyisa bya Russia." }, { "english": "The arms trade is however highly secretive.", "luganda": "Ensuubulagana y'ebyokulwanyisa ya kyama nnyo." }, { "english": "It was revealed that agricultural company Green Horizon was a front for Israel.", "luganda": "Kyategeezebwa nti kkampuni y'ebyobulimi n'obulunzi eya Green Horizon yasembebwa ba Yizirayiri." }, { "english": "Russian President Vladimir Putin met with African leaders in Sochi.", "luganda": "Omukulembeze wa Russia Vladimir Putin yasisinkana n'abakulembeze ba Afirika mu Sochi." }, { "english": "General Yisrael Ziv's security company was supplying arms to South Sudan.", "luganda": "Kkampuni ya Yisrael eya Ziv's security company yali etunza South sudan ebyokulwanyisa." }, { "english": "Several sources claim to rank countries based on military strength.", "luganda": "Ensibuko ez'enjawulo zigamba okusengeka ensi okusinziira ku maanyi mu by'amagye." }, { "english": "Ethiopia is considered to have the highest firepower.", "luganda": "Ethiopia etwalibwa okuba n'ebyokulwanyisa eby'amaanyi." }, { "english": "But Kenya and Uganda are far behind countries like Angola.", "luganda": "Naye Kenya ne Uganda nsi eziri emabega nga Angola." }, { "english": "Rising tension has been high at the Uganda-Rwanda borders.", "luganda": "Obunkenke bubadde waggulu ku nsalo ya Uganda ne Rwanda." }, { "english": "President Museveni and Paul Kagame have blocked open public discussion on the issues.", "luganda": "Pulezidenti Museveni ne Paul Kagame bagaanye okukubaganya ebirowoozo mu lwatu ku nsonga." }, { "english": "Tension on the Rwanda- Burundi border has lasted longer.", "luganda": "Obunkenke ku nsalo za Rwanda ne Burundi bumaze ebbanga ddene." }, { "english": "President Pierre Nkurunziza accuses Kagame of being the mastermind of a twenty fifteen coup attempt in Bujumbura.", "luganda": "Pulezidenti Pierre Nkurunziza alumiriza Kagame okukulemberamu obulumbaganyi bw'okuvuunika gavumenti mu nkumi bbiri mu kkumi n'etaano e Bujumbura." }, { "english": "Kigali accuses Bujumbura of sheltering camps of Democratic Forces for the Liberation of Rwanda rebels.", "luganda": "Kigali erumiriza Bujumbura okubudamya enkambi za Democratic Forces okusumulula abayekera ba Rwanda" }, { "english": "The open hostility between Rwanda and Uganda is newer.", "luganda": "Obutakwatagana bw'olwatu wakati wa Rwanda ne Uganda buggya." }, { "english": "Museveni and Kagame were once comrades.", "luganda": "Museveni ne Kagame baakolaganako." }, { "english": "Wars in Uganda Rwanda and the Democratic Republic of Congo were commanded by Museveni and his lieutenant Kagame.", "luganda": "Entalo mu Uganda Rwanda ne Democratic Republic of Congo zaaduumirwanga Museveni ne loteenaanti we Kagame." }, { "english": "Since becoming president Kagame has sought to break away from being Museveni's lieutenant.", "luganda": "Okuva lwe yafuuka pulezidenti Kagame alowoozezza ku ky'okuva ku bwa loteenaanti wa Museveni." }, { "english": "As the independent has reported before the two now view each other with suspicion.", "luganda": "Nga Independent bwe yawandiika emabega Ababiri kati beeraba n'okwekengera kw'amaanyi." }, { "english": "The International Crisis Group reported that there is a quarrel between Rwanda and Uganda.", "luganda": "International Crisis group yawandiika nti waliwo okuyombagana wakati wa Rwanda ne Uganda." }, { "english": "According to International Crisis Group: Their twenty-year collaboration means they know each other's secrets.", "luganda": "Okusinziira ku International Crisis Group; enkolagana yabwe ey'emyaka abiri etegeeza nti beemanyi ebyama." }, { "english": "The top leaderships tend to see previously close associates as possible enemies.", "luganda": "Abakulembeze ab'oku ntikko bagezaako okulaba abaali bakolagana ng'abanaafuuka abalabe." }, { "english": "The Rwanda leadership now views Museveni as an enemy.", "luganda": "Obukulembeze bwa Rwanda bulaba Museveni ng'omulabe." }, { "english": "He is known for his good negotiations.", "luganda": "Amanyiddwa olw'enteeseganya ze ennungi." }, { "english": "It is difficult for leadership in Kigali to trust Museveni's commitment to any agreement.", "luganda": "Kizibu obukulembeze mu Kigali okwesiga okwewaayo kwa Museveni ku ndagaano yonna." }, { "english": "In return the Ugandan leadership views Kagame as resilient.", "luganda": "Ekyennyume ky'ekyo obukulembeze bwa Uganda bulaba Kagame nga omuwanguzi." }, { "english": "The Daily Monitor newspaper in Kampala in December twenty eighteen quoted Kagame.", "luganda": "Amawulire ga The Daily Monitor mu Kampala mu Gwekkumi n'ebiri nkumi bbiri kkumi na munaana gwajulira Kagame okugamba" }, { "english": "Those challenges have been changing forms.", "luganda": "Okusoomooza okwo kubadde kukyukakyuka." }, { "english": "When it comes to us our history we do not take security challenges lightly.", "luganda": "Bwe kituuka ku ffe ebyafaayo byaffe tetutwala bisoomooza bya kwerinda nga byalubalaato" }, { "english": "We would not want to be found wanting in terms of taking care of our security.", "luganda": "Tetwandyagadde kusangibwa nga twagala okufaayo mu nsonga z'ebyokwerinda byaffe." }, { "english": "Big or small we will take care of it.", "luganda": "Kinene oba kitono tujja kukirabirira." }, { "english": "We have people in the region others far away.", "luganda": "Tuyina abantu mu kitundu abalala bali wala nnyo." }, { "english": "Some help people involved in political struggles.", "luganda": "Waliwo abo abayamba abantu abeenyigira mu ntalo z'ebyobufuzi." }, { "english": "We have to remind them that is not their business.", "luganda": "Tuyina okubajjukiza nti tebibakwatako." }, { "english": "This attitude shows that Kagame feels that his government faces constant threats.", "luganda": "Embeera eno eraga nti Kagame awulira nti gavumenti ye efuna okutiisibwatiisibwa buli kaseera." }, { "english": "The feeling is compounded by a history of oppression.", "luganda": "Empulira eno ezingiramu ebyafaayo by'okunyigirizibwa" }, { "english": "African government spent forty billion six million United States dollars.", "luganda": "Gavumenti ya Afirika yasaasaanya obuwumbi makumi ana n'obukadde mukaaga obwa ddoola z'Amerika." }, { "english": "This was the largest relative annual decrease since the war peak reached.", "luganda": "Kuno kwe kukendeera okukyasinze obunene bwogeraageranya mu mwaka okuva ku ntikko y'olutalo." }, { "english": "Military expenditure in Africa was still higher in two thousand eighteen than in two thousand nine.", "luganda": "Ensaasaanya ya bannamagye mu Afirika yali ekyali waggulu mu nkumi bbiri kkumi na munaana okusinga mu nkumi bbiri mwenda." }, { "english": "Kagame officiated a swearing-in ceremony of new cabinet ministers at parliament in Kigali.", "luganda": "Kagame yakulembera omukolo gw'okulayira kwa ba Minisita ba kabineti ku paalamenti mu Kigali." }, { "english": "Uganda said it would only join bilateral military arrangements with the Democratic Republic of Congo.", "luganda": "Uganda yagamba nti esobola okweyunga ku nteekateeka z'amagye ne Democratic Republic of Congo yokka." }, { "english": "On their base near the border with Rwanda Eastern Rwanda Burundian soldiers were hit.", "luganda": "Abajaasi ba Burundi baakubwa ku nkambi yabwe kumpi n'ensalo za Rwanda Obuvanjuba bwa Rwanda." }, { "english": "Their level of sophisticated equipment went beyond that of a rebel outfit", "luganda": "Eddaala ly'ebikozesebwa byabwe eddungi lyasinga ku ebyo ebikozesebwa by'abayeekera." }, { "english": "State Minister for East African Community told about the false accusations made by Burundi.", "luganda": "Minisita w'ensonga z'omunda ow'ekitundu kya East Afirika yayogedde ku kulumiriza okw'obulimba okukolebwa Burundi." }, { "english": "Ethiopian Prime Minister Abiy Ahmed checks out model tanks.", "luganda": "Kattikiro wa Ethiopia Abiy Ahmed akebedde ttanka ez'omulembe." }, { "english": "Allied Democratic Forces for years has been based in the Democratic Republic of Congo.", "luganda": "Allied Democratic Forces emyaka mingi ebadde esinziira mu Democratic Republic of Congo." }, { "english": "The Great Lakes Region is a neat pile of dry grass waiting for a single match stick to set it on fire.", "luganda": "Ekitundu kya Great Lakes Region kiyina omuganda gw'essubi ekkalu eririndiridde akati k'ekibiriti okulikumako omuliro." }, { "english": "China is scrambling to catch up with Russia in shipping arms to these countries.", "luganda": "China erwana okutuuka Russia mu kuweereza eby'okulwanyisa mu nsi zino." }, { "english": "Excitement over military cooperation and military hardware almost obscured deals in nuclear oil gas agriculture and diamonds.", "luganda": "Okusanyukira enkolagana mu by'amagye si kya bulijjo." }, { "english": "A recent winner of the Nobel Peace Prize was photographed pensively eyeing model tanks.", "luganda": "Omuwanguzi asembyeyo owa Nobel Peace Prize yakubiddwa ebifaananyi ng'alowooza nga bw'alaba ttanka ez'omulembe." }, { "english": "Russia leads in sales to Africa between two thousand seventeen and two thousand thirteen.", "luganda": "Russia ekulembera mu kutunza Afirika wakati wa nkumi bbiri kkumi na musanvu ne nkumi bbiri kkumi na ssatu" }, { "english": "Twenty-one military agreements were signed in the last five years between Russia and Africa.", "luganda": "Endagaano z'ekinnamagye abiri mu emu zezassibwako omukono mu myaka etaano egiyise wakati wa Russia ne Afirika." }, { "english": "Africa accounts for twenty-one percent of China's arms exports according to the Stockholm International Peace Research Institute", "luganda": "Afirika etwala ebitundu abiri mu kimu ku kikumi ku by'okulwanyisa bya China by'etunda okusinziira ku Stockholm International Peace Research Institute" }, { "english": "Chinese arms boast similar features to Russian weapons according to military expert reports.", "luganda": "Ebyokulwanyisa bya China birina kye bisinga ku by'okulwanyisa bya Rassia okusinziira ku alipoota z'abakugu mu magye." }, { "english": "Uganda's biggest purchases from Russia happened in two thousand eleven.", "luganda": "Uganda lwe yasinga okugula mu Russia lwaliwo mu nkumi bbiri kkumi na gumu." }, { "english": "In two thousand seventeen it got six helicopters from Russia.", "luganda": "Mu nkumi bbiri kkumi na musanvu yafuna namunkanga mukaaga okuva e Russia." }, { "english": "Rwanda's Liberation Day was overseen by Chinese instructors from the People's Liberation Army Honor Guard.", "luganda": "Olunaku lwa Rwanda olw'ameenunula lwakulemberwa abadduumizi aba China okuva mu People's Liberation Army Honor Guard." }, { "english": "Rwanda and Burundi are rarely explored based on military strength.\"", "luganda": "Rwanda ne Burundi balwawo okunoonyerezebwako ku musingi gw'amaanyi g'amagye." }, { "english": "Angola is playing a significant role in the current Great Lakes region tension.", "luganda": "Angola eyina omugaso gw'amaanyi mu bunkenke obuliwo mu kitundu kya Great Lakes." }, { "english": "From the twenty-seventh of February Kigali stopped allowing travelers and Vehicles from Uganda.", "luganda": "Okuva abiri musanvu Ogwokubiri Kigali yayimiriza okukkiriza abatambuze n'ebidduka okuva mu Uganda." }, { "english": "Since two thousand seventeen Burundi banned the export of fruits and vegetables to Rwanda.", "luganda": "Okuva mu nkumi bbiri kkumi na musanvu Burundi yawera okutwala ebibala n'enva endiirwa e Rwanda" }, { "english": "The open hostility has a longer history of mutual suspicion and tension obscured.\"", "luganda": "Obulabe obwolujjudde buyina ebyafaayo biwanvu okwekengera n'obunkenke obutategeerekeka" }, { "english": "Museveni and Kagame commanded wars that toppled governments.", "luganda": "Museveni ne Kagame baadduumira entalo ezaggyako gavumenti." }, { "english": "As a war strategy he used the struggle against the military junta in Uganda.", "luganda": "Nga enkola y'olutalo yakozesa olutalo okuggyako akabinja ka bannamagye e Uganda" }, { "english": "Rwanda does not take lightly threats of invasions from neighboring countries", "luganda": "Rwanda tetwala byakugitiisatiisa okugirumba okuva mu nsi ezigyetoolodde nga bya lubalaato." }, { "english": "Are they inviting us to get involved in their politics?", "luganda": "Batuyita kwenyigira mu byabufuzi byabwe?" }, { "english": "The reality of defending a geographically small country in a hostile environment.", "luganda": "Amazima g'okukuuma ensi entono mu bwebungulule obukambwe." }, { "english": "African government spent an estimate of two point two percent on global military", "luganda": "Gavumenti ya Afirika yasaasaanya mu kuteebereza ebitundu bbiri n'obutundu bubiri ku kikumi ku by'ekinnamagye." }, { "english": "Kagame officiated a swearing-in ceremony of senior military officials at parliament in Kigali.", "luganda": "Kagame yakulemberamu omukolo gw'okulayira kwa bannamagye abakulu ku paalamenti mu Kigali." }, { "english": "The Allied Democratic Forces were to fight the Kampala government.", "luganda": "Aba Allied Democratic Forces baali baakulwanyisa gavumenti ya Kampala" }, { "english": "Russia supplies thirty-nine percent of Africa's imported arms.", "luganda": "Russia egaba ebitundu asatu mu mwenda ku kikumi eby'okulwanyisa okuva ebweru." }, { "english": "Direct travels between Rwanda and Burundi ceased.", "luganda": "Okutambula obutereevu wakati wa Rwanda ne Burundi biyimiriziddwa." }, { "english": "There are cordial ties among the Rwandan Tutsi and Uganda Hima ethnic groups.", "luganda": "Waliwo enkolagana ennungi wakati w'Abatuusi Abannyarwanda n'ebibinja bya'Abahima ab'e Uganda." }, { "english": "It seems like the minister is on a mission.", "luganda": "Kirabika nga Minisita alina ekigendererwa ky'aliko." }, { "english": "Erias Lukwago has resolved to write to the Kadaga.", "luganda": "Erias Lukwago asazeewo okuwandiikira Kadaga." }, { "english": "I did not intend to silence you and the Parliament", "luganda": "Saagenderedde kukusirisa ne paalamenti." }, { "english": "There are so many approaches in the struggle to liberate Uganda.", "luganda": "Waliwo engeri nyingi nnyo ez'okulwana okununula Uganda." }, { "english": "Robert Kyagulanyi and his supporters on November twenty-sixth in Kamwokya celebrated his award.", "luganda": "Robert Kyagulanyi n'abawagizi be mu Gwekkumi na gumu nga abiri mukaaga baajaguza obuwanguzi bw'e Kamwokya." }, { "english": "The former managing editor of the New Vision newspapers William Pike received the award.", "luganda": "Eyali akulira emirimu mu lupapula lwa New Vision William Pike yeyafunye ekirabo." }, { "english": "President Museveni has given out Sixty five cars to Resident District Commissioners.", "luganda": "Pulezidenti Museveni awaddeyo emmotoka nkaaga mu ttaano eri ababaka ba Pulezidenti mu disitulikiti." }, { "english": "The Resident District Commissioners are currently deployed to promote government programs.", "luganda": "Ababaka ba Pulezidenti mu disitulikiti kati basindikiddwa okutumbula enteekateeka za gavumenti." }, { "english": "National Water and Sewerage Corporation is to set up three training facilities across the country.", "luganda": "Ekitongole ky'amazzi ne kazambi kya kussaawo okutendekebwa kwa mirundi esatu okwetooloola eggwanga." }, { "english": "Mugisha made the revelation during the graduation of the staff.", "luganda": "Mugisha yabotodde ensonga mu kutikkira kw'abakozi." }, { "english": "National Water and Sewerage Corporation can't grow sustainably without continuously training the people.", "luganda": "Ekitongole ky'amazzi ne kazambi tekisobola kukulaakulana bulungi awatali kugenda mu maaso na kutendeka bantu." }, { "english": "We want to graduate two thousand people instead of the three hundred.", "luganda": "Twagala okutikkira abantu enkumi bbiri mu kifo ky'ebikumi ebisatu." }, { "english": "This November marked twenty years since Colonel Kizza Besigye authored his famous dossier.", "luganda": "Mu Gwekkumi na gumu guno gyawera emyaka abiri okuva Kkano Kiiza Besigye lwe yawandiika omukuku gwe ogw'ekiwandiiko ekimanyiddwa." }, { "english": "The document disturbed the class system of the National Resistance Movement.", "luganda": "Ekiwandiiko kyataataaganya ensengeka y'abantu ya National Resistance Movement." }, { "english": "Doctor Besigye criticized the creeping authoritarianism under President Museveni.", "luganda": "Dokita Besigye yakolokota obwannakyemalira obweyongera wansi wa Pulezidenti Museveni." }, { "english": "Besigye stated that he had taken a keen interest and participated in political activities.", "luganda": "Besigye yakinogaanyizza nti yali afunye obwagazi era n'eyeenyigira mu byobufuzi." }, { "english": "This was during a period of intense jostling to topple.", "luganda": "Kino kyabaddewo mu kaseera k'okusindikirizibwa okw'amaanyi okugwa." }, { "english": "Besigye is aware of the euphoria excitement and hope with which Ugandans received.", "luganda": "Besigye amanyi essanyu okukyamuukirira n'essuubi bannayuganda lye baafunye." }, { "english": "He accused the National Resistance Movement of sectarianism.", "luganda": "Yalumirizza National Resistance Movement okusosola mu mawanga." }, { "english": "He declared to stand for the presidency.", "luganda": "Yalangiridde okwesimbawo ku bwa Pulezidenti." }, { "english": "Besigye has stood three more times against Museveni.", "luganda": "Besigye yeesimbye ku Museveni emirundi emirala esatu." }, { "english": "The speaker of Parliament Rebecca Kadaga was seen on President Museveni's ranch in Kisozi.", "luganda": "Omukubiriza wa paalamenti Rebecca Kadaga yalabiddwako ku ddundiro lya Pulezidenti Museveni e Kisozi." }, { "english": "Kadaga was railing on a possible scam surrounding the construction of the bridge.", "luganda": "Kadaga yabadde yeemulugunya ku bufere obwetooloolera ku kuzimbibwa kw'olutindo." }, { "english": "Kadaga joined Museveni at the ranch.", "luganda": "Kadaga yeegasse ku Museveni ku ddundiro lye." }, { "english": "Elly Karuhanga last week took over the chairmanship of Private Sector Foundation Uganda.", "luganda": "Elly Karuhanga sabbiiti ewedde yawangula obwa ssentebe bwa Private Sector Foundation Uganda." }, { "english": "Karuhanga was elected the board chairman.", "luganda": "Karuhanga yalondeddwa nga ssentebe w'olukiiko olufuzi." }, { "english": "Former Agriculture Minister Victoria Sekitooleko will deputize Karuhanga.", "luganda": "Eyaliko minisita w'ebyobulimi Victoria Sekitooleko y'ajja okumyuka Karuhanga." }, { "english": "Other ten members were elected to the board.", "luganda": "Bammemba abalala kkumi baalondeddwa ku lukiiko olufuzi." }, { "english": "Gideon Badagawa the current executive director is a former official.", "luganda": "Gideon Badagawa ssenkulu aliko yaliko omukungu." }, { "english": "My term of office ends today.", "luganda": "Ekisanja kyange ekya woofiisi kiggwako leero." }, { "english": "I am officially handing over to the very capable Elly Karuhanga.", "luganda": "Mu butongole mpaayo obuyinza eri Elly Karuhanga asobolera ddala." }, { "english": "I have confidence that the new board will take Private Sector Foundation Uganda forward.", "luganda": "Nina obuvumu nti olukiiko oluggya lujja kutwala Private Sector Foundation Uganda mu maaso." }, { "english": "Uganda raises profile as Meetings Incentives Conferences and tourism destination.", "luganda": "Uganda eri waggulu mu bintu nga enkiiko ebisikiriza emisomo n'ebifo by'obulambuzi." }, { "english": "The team is from Uganda Tourism Board has just completed a three-day expo.", "luganda": "Ttiimu ekuva mu Uganda Tourism Board yaakamaliriza omwoleso ogw'ennaku essatu." }, { "english": "The exhibition is the leading global event for the Meetings Incentives Conferences and Events industry.", "luganda": "Omwoleso gwe gusinga mu nsi yonna mu nkiiko ebisikiriza emisomo n'ebyamakolero." }, { "english": "Then it was coming out every three weeks.", "luganda": "Olwo kyali kifuluma buli luvannyuma lwa wiiki ssatu." }, { "english": "The Independent is renowned for its groundbreaking investigations.", "luganda": "Independent emanyiddwa mu kunoonyereza ennyo." }, { "english": "Its journalists have won numerous awards.", "luganda": "Bannamawulire baayo bawangudde engule eziwera." }, { "english": "The magazine was founded by veteran journalist Andrew Mwenda.", "luganda": "Akatabo kaatandikibwa munnamawulire eyagannyuka Andrew Mwenda." }, { "english": "Sarah Ngororano is the graphic designer of Independent Publications Limited.", "luganda": "Sarah Ngororano ye muteesiteesi w'ebifaananyi ebifulumizibwa mu Independent Publications Limited." }, { "english": "Media Council of Kenya is in participation with the Food and Agriculture Organization.", "luganda": "Akakiiko ka bannamawulire mu Kenya kakwataganye n'ebitongole by'emmere n'ebyobulimi." }, { "english": "Bwire spoke at the Kenya Science Journalist Congress at Sai Rock Hotel in Mombasa.", "luganda": "Bwire yayogedde mu Kenya Science Journalist Congress ku Sai Rock Hotel e Mombasa." }, { "english": "This development however is subject to the Council's conclusion of the curriculum development.", "luganda": "Enkulaakulana eno wabula yava ku kusalawo kw'akakiiko akateekateeka ebisomesebwa." }, { "english": "Bwire revealed that the Kenya Media Council is working with Makerere University.", "luganda": "Bwire yategeezezza nti Kenya Media Council ekolagana ne ssettendekero wa Makerere." }, { "english": "The Uganda People Defense Force Jinja-based Legal Training Centre received a donation.", "luganda": "Uganda People Defence Force Jinja based Legal Training Centre yafunye obuyambi." }, { "english": "The computers were delivered and handed over to Legal Training Centre.", "luganda": "Kompyuta zaaleeteddwa ne ziweebwayo eri Legal Training Centre." }, { "english": "Twenty-one Uganda People Defense Force Officers have trained.", "luganda": "Boffiisa ba Uganda People's Defence Force abiri mu omu baatendekeddwa." }, { "english": "Samba Henk said that the Netherlands has not only provided equipment to Legal Training Center.", "luganda": "Samba Henk yagambye nti Netherlands tekomye kuwa Legal Training Centre bikozesebwa byokka." }, { "english": "The ambassador said that he is glad that the Legal Training Center has made a transition.", "luganda": "Ambasadda yagambye nti musanyufu nti Legal Training Centre ekulaakulanye." }, { "english": "He concluded that all these donations are a gesture of good collaboration.", "luganda": "Yamalirizza nti obuyambi buno kabonero akalaga enkolagana ennungi." }, { "english": "While presiding over the ceremony the commandant junior appreciated the contribution from the Netherlands government.", "luganda": "Mu kuggulawo omukolo omuduumizi w'eddaala erisookerwako yasiimye obuyambi okuva mu gavumenti ya Netherlands." }, { "english": "The Independent magazine marks its six hundredth issue.", "luganda": "Akatabo ka Independent kaawezezza olufulumya olw'omulundi ogwolukaaga." }, { "english": "The director of Wamala Mixed Secondary School Assad Wamala in Mpigi.", "luganda": "Omukulu wa Wamala Mixed Secondary School Assad Wamala ali Mpigi." }, { "english": "Students of the school have reportedly come forward.", "luganda": "Abayizi b'essomero kigambibwa bavuddeyo." }, { "english": "One of the students is a senior two student at the school.", "luganda": "Omu ku bayizi ali mu siniya eyokubiri mu ssomero." }, { "english": "President Museveni has ordered a deeper probe into the case.", "luganda": "Pulezidenti Museveni alagidde wabeewo okunoonyereza okwebuziba mu musango." }, { "english": "The appointment of Catherine Kusasira by President Museveni.", "luganda": "Pulezidenti Museveni yalonda Catherine Kusaasira." }, { "english": "Salim Uhuru the Kampala central National Resistance Movement chairman.", "luganda": "Salim Uhuru Ssentebe wa National Resistance Movement mu masekkati ga Kampala" }, { "english": "To solve the matter Museveni dispatched Ronald Kibuule.", "luganda": "Museveni yasindise Ronald Kibuule okugonjoola ensonga ." }, { "english": "Trouble started when Kusasira snubbed a meeting Uhuru and others had organized.", "luganda": "Obuzibu bwatandise Kusaasira bweyesambye olukiiko Uhuru n'abalala lwe baategese." }, { "english": "Matters worsened when Kusasira said that the party leaders had to write to her.", "luganda": "Ensonga zeyongedde okwonooneka Kusaasira bwe yagambye nti abakulu b'ekibiina baabadde balina okumuwandiikira." }, { "english": "Uhuru Godfrey Nyakana the National Resistance Movement chairperson for Kampala.", "luganda": "Uhuru Godfrey Nyakaana ye ssentebe wa National Resistance Movement mu Kampala." }, { "english": "The National Resistance Movement bosses in Kampala continue to bicker.", "luganda": "Abakulu mu National Resistance Movement mu Kampala bakyayongera okulumangana." }, { "english": "Leading Pan African Service provider Submarine Cable Operator has partnered with Raxio Data Center.", "luganda": "Nakinku mu by'empeereza ku lukalu lwa Afirika Submarine Cable Operator ekwataganye ne Raxio Data Center." }, { "english": "Always at the forefront of driving connectivity in Africa", "luganda": "Okubeeranga ku mwanjo mu kusembeza enkwatagana mu Afirika." }, { "english": "Radio Uganda's world-class facility will become the cornerstone of digitization in the country.", "luganda": "Ekyuuma kya Radio Uganda kiri ku mutindo gwa nsi yonna era kyakufuuka ettabiro y'ebyenkola ya tekinologiya mu ggwanga." }, { "english": "This will help to provide a consistent and reliable experience for undersea cable customers in the region.", "luganda": "Kino kijja kuyamba okuteekawo enkola eyesigamwako eri abakozesa ebyempuliziganya ebiyita wansi mu mazzi mu kitundu." }, { "english": "The cable operator will drive the internet of Uganda closer to businesses.", "luganda": "Cable operator ejja kusembeza ebya yintaneti mu Uganda kumpi n'ebyobusuubuzi." }, { "english": "Radio Uganda was established by First Brick Holdings.", "luganda": "Radio Uganda yatandikibwawo First Brick Holdings." }, { "english": "Radio Uganda will offer a wide variety of connectivity options.", "luganda": "Radio Uganda ya kuteekawo engeri z'okugyeyungako nyingi." }, { "english": "The new data center is currently under construction.", "luganda": "Awakungaanyizibwa ebyetaagibwa awapya wali mu kuzimbibwa." }, { "english": "Urbanization puts more pressure on existing water sources and bodies.", "luganda": "Okusuumuusa ebibuga kiteeka obunkenke ku migga n'emikutu gy'amazzi." }, { "english": "Company officials on November twenty-sixth announced the launch of a water recovery plant.", "luganda": "Abakungu mu kkampuni baatongoza awaddabirizibwa amazzi mu mwezi gwekkumi na gumu nga abiri mu mukaaga." }, { "english": "The Uganda Brewery Limited Managing Director said the plan is a strategic investment.", "luganda": "Omukulembeze ow'okuntiko owa Uganda Brewery Limited yagambye nti enteekateeka nnungi mu kusiga ensimbi." }, { "english": "Uganda Breweries a subsidiary of Diageo has adopted this ambitious goal.", "luganda": "Uganda Breweries ekitundu ku Diageo yeddiza ekigendererwa kino." }, { "english": "He added that they aim to achieve efforts in areas of greatest impact.", "luganda": "Yagambye nti ekigendererwa kyabwe kwe kuteeka amaanyi mu bifo ebisinga okuba nga bikwata ku bantu." }, { "english": "The water treatment project offers a treatment capacity of a thousand cubic meters of water.", "luganda": "Omulimu ogw'okusengejja amazzi gukola ku mazzi agaweza mita lukumi." }, { "english": "Increased connectivity boosted in Uganda.", "luganda": "Okwongera okuyungibwa kuteekedwamu amaanyi mu Uganda." }, { "english": "The high court ordered Senior Police Officer Godfrey Bangirana to vacate office.", "luganda": "Kkooti ensukkulumu yalagidde offiisa omukulu Godfrey Bangirana okuva mu yafeesi." }, { "english": "The government inspector general has failed to collect twenty-four billion Ugandan shillings.", "luganda": "Insipekita genero wa gavumenti alemereddwa okukungaanya obuwumbi abiri mu buna eza Uganda." }, { "english": "Chairperson of the Uganda Human Rights Commission Med Kaggwa passed away.", "luganda": "Ssentebe wa Uganda human Rights Commission Meddie Kaggwa yafudde." }, { "english": "World's largest measles epidemic has killed five thousand.", "luganda": "Obulwadde bwa Mulangira obusinga okutta mu nsi yonna busse enkumi ttaano." }, { "english": "There have been two hundred thirty-three thousand three hundred thirty-seven measles cases.", "luganda": "Obulwadde bwa mulangira bukute abantu abawera emitwalo abiri mu esatu mu enkumi ssatu mu bisatu mu asatu mu musanvu." }, { "english": "The huge majority of the affected people are kids.", "luganda": "Abasinga kubakwattiddwa baana bato." }, { "english": "Measles cases in the Democratic Republic of Congo this year is more than triple.", "luganda": "Omuwendo gwabakwatiddwa obulwadde bwa mulangira mu Democratic Republic of Congo omwaka guno gukubisiddwamu emirundi esatu." }, { "english": "The Democratic Republic of Congo is also faced with an Ebola outbreak.", "luganda": "Democratic Republic of Congo era ebalusemu n'obulwadde bwa Ebola." }, { "english": "Measles is a contagious viral disease.", "luganda": "Obulwadde bwa mulangira bukwata okuva ku muntu ate ne busaasaana mangu." }, { "english": "Eventually infected people will develop a distinctive blotchy rash.", "luganda": "Ku nkomerero abalwadde bayiikirwa oluyinja ku lususu." }, { "english": "Fortunately it is preventable with the help of effective vaccinations", "luganda": "Ekirungi buziyizibwa n'obuyambi bw'eddagala erigemebwa." }, { "english": "The Democratic Republic of Congo suffers from a worryingly low vaccination rate.", "luganda": "Okugemesa kutono nnyo mu Democratic Republic of Congo ekintu ekyeraliikiriza." }, { "english": "From two thousand seventeen to two thousand eighteen the immunization rate was fifty-seven percent.", "luganda": "Okuva mu nkumi bbiri kkumi na musanvu paka mu nkumi bbiri kkumi na munaana okugemesa kwali ku bitundu ataano musanvu ku kikumi." }, { "english": "Immunization coverage in the European World Health region was ninety-four percent.", "luganda": "Okugemesa mu mawanga g'abazungu okusinziira ku byobulamu mu nsi yonna kujjumbirwa kyenda mu nnya ku kikumi." }, { "english": "World Health Organization argues that vaccination coverage of ninety-five percent of the population.", "luganda": "Ekitongole ky'ebyobulamu mu nsi yonna kigamba nti okugemesa kuli ku kyenda mu taano ku kikumi." }, { "english": "The editor welcomes short and concise letters from our esteemed readers on current matters.", "luganda": "Omusunsuzi ayaniriza obubaluwa obumpimpi nga butuukira ku nsonga okuva eri abasomi baffe ku nsonga eziriwo." }, { "english": "You can contact the magazine editor through electronic mail.", "luganda": "Osobola okutuukirira omusunsuzi w'akatabo nga oyita mu bbaluwa ey'okumutimbagano." }, { "english": "Health news analysis businesses treat bad health with simple nutrition.", "luganda": "Amawulire g'ebyobulamu mu busuubuzi gatunuulira ndya yakigero." }, { "english": "Pretty good however this is simply assembling not production.", "luganda": "Kirungi naye kuno kuzimba sso si kufulumya kiwedde." }, { "english": "Have they thought of manufacturing the phone parts from Uganda rather than importing them?", "luganda": "Baalowoozezza ku ky'okufulumiza ebitundu by'essimu mu Uganda okusinga okubiggya ebweru?" }, { "english": "Though you call it partnership", "luganda": "Wadde okiyita kutta mukago." }, { "english": "The Minister has created a big crisis at the City Hall.", "luganda": "Minisita aleesewo akasambatuko ku City Hall." }, { "english": "They explained the current situation at Kampala Capital City Authority through writing.", "luganda": "Banyonnyodde embeera eri ku Kampala Capital City Authority mu buwandiike." }, { "english": "The Minister of energy apologized to the speaker.", "luganda": "Minisita w'amasanyalaze yetondedde Sipiika." }, { "english": "It requires signing a petition to the International Criminal Court.", "luganda": "Kirimu okuteeka omukono ku kiwandiiko ekya kkooti y'ensi yonna ey'abamenyi b'amateeka." }, { "english": "The Young African Male politician of the year was organized by the African Leaders Summit.", "luganda": "Omuvubuka asukkulumye mu byobufuzi by'omwaka owa Afirika zaategekebwa Afirikan Leaders Summit." }, { "english": "William Pike received the award from Abaas Mpindi at the Media Challenge Awards.", "luganda": "William Pike yafunye ekirabo okuva ku Abaas Mpindi ku Media Challenge Awards." }, { "english": "The Resident District Commissioners are from different regions.", "luganda": "Abakiikirira Pulezidenti ku disitulikiti bava mu bitundu bya njawulo." }, { "english": "Watuwa said the sixty-five cars constitute fifty percent of the Resident District Commissioners.", "luganda": "Watuwa yagambye nti emmotoka enkaaga mu ettaano zikola ebitundu ataano ku kikumi eby'abakiikirira Pulezidenti ku disitulikiti." }, { "english": "Silver Mugisha the managing director revealed plans by the National Water and Sewerage Corporation.", "luganda": "Silver Mugisha omukulembeze ow'oku ntiko ye yayanjudde enteekateeka eza National water and Sewerage Corporation." }, { "english": "The staff graduated took part in the re-skilling training.", "luganda": "Okutikirwa kw'abakozi abenyigidde mu kubangulwa." }, { "english": "National Water and Sewerage Corporation has trained about one thousand people.", "luganda": "National water and Sewerage Corporation ebangudde abantu nga lukumi." }, { "english": "Rose Kaggwa revealed that the latest graduation attracted three hundred twenty-three graduates.", "luganda": "Rose Kaggwa yayanjjizza nti amatikkirwa agaakaggwa gaalimu abaatikkirwa bisatu abiri mu basatu." }, { "english": "An insider's view on how National Resistance Movement lost the broad base.", "luganda": "Endaba y'omuntu ow'omunda ku ngeri National Resistance Movement gye yafiiriddwamu obuwagizi obwawaka." }, { "english": "Uganda was in the throes of a one-party political system.", "luganda": "Uganda yali mu bulumi obw'obukulembeze obw'ekibiina ekimu." }, { "english": "By then President Museveni was in his thirteenth year in power.", "luganda": "Mu kiseera ekyo Pulezidenti Museveni yali mu mwaka gwa kkumi n'esatu mu buyiza." }, { "english": "Besigye participated in political activities on the Ugandan scene since the late nineteen seventies.", "luganda": "Besigye yenyigira mu byobufuzi bya Uganda okuva ku nkomerero ya lukumi mu lwenda nsanvu." }, { "english": "It later succeeds the Idi Amin regime.", "luganda": "Oluvannyuma kisikira omulembe gwa Idi Amin." }, { "english": "The dossier resulted in the court martialing of colonel Besigye.", "luganda": "Ebyafaayo bye byaviiriddemu Coloneeri Besigye okutwalibwa mu kkooti y'amagye." }, { "english": "The party is a one-man dictatorship he further accused.", "luganda": "Ekibiina kyafuuka kya nakyemalira bwe yagambye." }, { "english": "It was during the two thousand one elections.", "luganda": "Kyali mu biseera bya kulonda kwa bbiri gumu." }, { "english": "Besigye has suffered the anger of the National Resistance Movement with teargas and constant arrests.", "luganda": "Besigye alozezza ku busungu bwa National Resistance Movement okuli ttiyagaasi n'okusibwa buli budde." }, { "english": "There are murmurs on the motive of the speaker's initiation by the President.", "luganda": "Waliwo oluvuvuumo ku kigendererwa kya Pulezidenti okwanjula sipiika." }, { "english": "The bridge is from Kayunga to Kamuli.", "luganda": "Olutindo luva kayunga paka Kamuli." }, { "english": "Museveni was being visited by investors from the United States.", "luganda": "Museveni yakyaliddwa abasigansimbi abava mu United States." }, { "english": "Elly Karuhanga took over the leadership from Patrick Bitature who had served two terms.", "luganda": "Elly Karuhanga obukulembeze yabuggye ku Patrick Bitature abadde yakakulembera ebisanja bibiri." }, { "english": "Karuhanga was elected during the meeting of the Private Sector Foundation Uganda.", "luganda": "Karuhanga yalondebwa mu lukiiko lwa Private Sector Foundation Uganda" }, { "english": "Victoria Sekitooleko will deputize Karuhanga for the next three years.", "luganda": "Victoria Sekitooleko yajja okumyuka Karuhanga okumala emyaka esatu egiddako." }, { "english": "Bitature lauded the Private Sector Foundation Uganda for the great work.", "luganda": "Bitature yatenderezza Private Sector Foundation Uganda olw'omulimu omulungi." }, { "english": "It has been a remarkable pleasure to serve you.", "luganda": "Kibadde kya kitiibwa nnyo okubaweereza." }, { "english": "Bitature said the new board will build a stronger and more resilient Uganda.", "luganda": "Bitature yagambye nti akakiiko akapya kajja kuzimba Uganda ey'amaanyi era engumu." }, { "english": "Tourism will improve Uganda's economy in the coming years.", "luganda": "Obulambuzi bujja kutumbula ebyefuna bya Uganda mu myaka egijja." }, { "english": "Uganda joined other nations in marketing itself as a preferred destination for the expo.", "luganda": "Uganda yegasse ku nsi endala okujjaguza olw'okunokolwayo nga esinga okwetanirwa okubeeramu omwoleso." }, { "english": "The global event takes place annually in Barcelona Spain.", "luganda": "Omukolo ogw'ensi yonna gubeerawo buli mwaka mu Barcelona ekya Spain." }, { "english": "It then graduated into a bi-weekly a year later.", "luganda": "Oluvannyuma kyakula ne kibeera mirundi ebiri mu wiki nga wayise omwaka." }, { "english": "The Independent has an insightful analysis of current affairs.", "luganda": "The Independent erina okunoonyereza okw'amakulu ku nsonga eziriwo." }, { "english": "It continues to set the pace for the coverage of politics and business news.", "luganda": "Eyongera okuteekawo omutindo mu kukwata amawulire agakwata ku by'obufuzi n'ebyenfuna." }, { "english": "The magazine is the most Independent and influential media platform for public policy debate.", "luganda": "Akatabo ke kasinga obutaba na kyekubiira ate nga ka nkizo mu kuwa abantu ekyokwogerako." }, { "english": "Sarah Ngororana described working on the milestone issue as an honor.", "luganda": "Sarah Ngororano yalaze ng'okukola ku muzingo ogusembayo bwe kiri ekyekitiibwa." }, { "english": "A United Nations agency is planning to start training journalists in Eastern Africa.", "luganda": "Ekibiina ky'amawanga amagatte kiteekateeka kutandika kutendeka bannamawulire mu buvanjuba bwa Afirika." }, { "english": "The training will target at least sixty journalists in Kenya Uganda and Ethiopia", "luganda": "Omusomo gwa kugenderera waakiri bannamawulire nkaaga mu Kenya Uganda ne Ethiopia." }, { "english": "The climate change reporting is currently underway.", "luganda": "Alipoota ekwata ku nkyuukakyuuka y'obudde eri mu kkubo." }, { "english": "The media council is in the process of sending its team to Addis Ababa Ethiopia.", "luganda": "Olukiiko lwa bannamawulire luli mu nteekateeka ya kuweereza tiimu mu Addis Ababa mu Ethiopia." }, { "english": "The training center received a donation from the government of the Netherlands.", "luganda": "Ekifo ekibangulirwamu kyafunye okudduukirirwa okuva mu gavumenti ya Netherlands." }, { "english": "The computers were handed over by the Netherlands ambassador to Uganda Henk Jan Bakker.", "luganda": "Ebyuuma bikalimagezi bya weereddwayo omukiise wa Netherlands mu Uganda Henk Jan Bakker." }, { "english": "The defense officers have completed their studies in Refugee Law and Human Rights.", "luganda": "Boffiisa b'ebyokwerinda baamaliriza emisomo gyabwe mu mateeka agakwata ku banoonyiboobubudamu n'eddembe ly'obuntu." }, { "english": "The Netherlands has also provided training both in Uganda and abroad to Ugandan students.", "luganda": "Netherlands ebangudde abayizi Bannayuganda mu Uganda n'ebweru wayo." }, { "english": "The center is already conducting such courses using its instructors and facilitators.", "luganda": "Ekifo kisomesa amasomo ago nga kikozesa abasomesa baakyo." }, { "english": "The collaboration is between the governments of Uganda and the Netherlands.", "luganda": "Enkolagana eri wakati wa gavumenti eya Uganda ne Netherlands." }, { "english": "The contribution is in terms of equipment and manpower of facilitators.", "luganda": "Obuyambi buli mu ngeri yabikozesebwa n'okusomesa." }, { "english": "East African journalists are to get training on climate change.", "luganda": "Bannamawulire mu buvanjuba bwa Afirika baakubangulwa ku mbeera y'obudde." }, { "english": "The school director will likely face charges of aggravated defilement and sexual assault.", "luganda": "Nannyini Ssomero yandigulwako ogwobuliisa maanyi nokukwata omuntu mu ngeri etyoboola." }, { "english": "Students are accusing the school director of defilement and rape.", "luganda": "Abayizi balumiriza omukulu w'essomero okubasobyako n'obuliisamaanyi." }, { "english": "Wamala was released on a police bond.", "luganda": "Wamala yateereddwa ku kakalu ka poliisi." }, { "english": "President Museveni appointed her as a special presidential advisor on Kampala affairs.", "luganda": "Pulezidenti Museveni yamulonze nga omuwabuzi ow'enjawulo ku nsonga za Kampala." }, { "english": "Other National Resistance Movement officials in Kampala have expressed their displeasure.", "luganda": "Abakungu ba National Resistance Movement abalala mu Kampala balaze obutali bumativu." }, { "english": "The minister of state for water is to meet Uhuru and others to calm tensions.", "luganda": "Minisita w'ensonga ez'omunda ow'amazzi wakusisinkana Uhuru n'abalala okusobola okukakanya obukuubagano." }, { "english": "National Resistance Movement leaders in Kampala were to air out their issues.", "luganda": "Abakulembeze ba National Resistance Movement mu Kampala baabadde baakwanja ensonga zaabwe." }, { "english": "Kusasira said the party leaders had to seek an appointment to meet her.", "luganda": "Kusaasira yagambye nti abakulembeze b'ekibiina babadde balina okufuna olukusa okumusisinkana." }, { "english": "The leaders cautioned Kusasira against under-mining the party in the execution of her new role.", "luganda": "Abakulembeze baalabudde Kusaasira obutayisa maaso mu kibiina ng'akola emirimu gye." }, { "english": "The school director faces defilement charges.", "luganda": "Nannyini Ssomero agulwako emisango gy'obuliisamaanyi." }, { "english": "Uganda's first carrier-neutral an enterprise-grade data center is scheduled to be launched.", "luganda": "Ekungaanyizo ly'ebikozesebwa erya bonna mu busuubuzi erisookedde ddala lyakuggulwawo mu Uganda." }, { "english": "The cable company recently launched Enterprise connectivity solutions in Africa.", "luganda": "Kkampuni ya Cable Company gye buvuddeko yatongoza engeri y'okuyungamu eby'obusuubuzi mu Afirika." }, { "english": "The facility will enable customers to seamlessly cross-connect within the data center.", "luganda": "Ekifo kyakuyamba ba kasitoma okukwatagana amangu mu kifo ekimu." }, { "english": "The Cable Operator offers affordable reliable and quality internet connectivity.", "luganda": "Kkampuni ya Cable ewa yintaneti esoboka eyesigika n'okuyungibwa ku yintanenti eyomulembe." }, { "english": "Radio Uganda is the first of its network of state-of-the-art centers across the region.", "luganda": "Laadiyo ya Uganda yesoose okubeera ne netiwaaka ey'omulembe okwetoloola eggwanga." }, { "english": "Radio Uganda will provide diversity and flexibility for cable company customers.", "luganda": "Radio Uganda yakugaziyiriza n'okwanguyiza ba kasitoma ba kkampuni ya Cable" }, { "english": "The construction is scheduled for completion in the first quarter of the year of two thousand and twenty.", "luganda": "Okuzimba kuteekedwateekeddwa kuggwa mu kitundutundu ky'omwaka bbiri abiri." }, { "english": "Uganda Breweries Limited is looking for ways to reduce the amount of water it uses.", "luganda": "Uganda Breweries Limited etema mpenda za kukendeeza muwendo gw'amazzi gekozesa." }, { "english": "The Water Recovery Plant is worth over ten million Uganda shillings.", "luganda": "Ekifo awalongoosebwa amazzi kiri eyo mu bukadde kkumi obwa Uganda." }, { "english": "Diageo's two thousand twenty water target is to reduce water consumption by fifty percent.", "luganda": "Enteekateeka ya Diageo ey'amazzi enkumi bbiri mu abiri yakukendeeza amazzi emirundi ataano ku kikumi." }, { "english": "Uganda Breweries is mindful of the scarcity of water during this time.", "luganda": "Uganda Breweries efaayo nnyo ku bbula ly'amazzi mu kiseera kino." }, { "english": "The impact is at their manufacturing and distribution points.", "luganda": "Awasinga obukulu wali awakolerwa n'awafulumizibwa." }, { "english": "The plants should be uprooted to prevent the widespread of diseases.", "luganda": "Ebirime birina okukuulibwa okwewala okusaasaanya endwadde." }, { "english": "Uganda breweries to use fifty percent less water in the year two thousand twenty.", "luganda": "Uganda Breweries yaakusala enkozesa y'amazzi ebitundu ataano ku kikumi mu mwaka bbiri abiri." }, { "english": "Godfrey Bangirana ignored directives.", "luganda": "Godfrey Bangirana yagaana ebiragiro." }, { "english": "The money was lost in the seventy-four-kilometer Mukono Katosi Road.", "luganda": "Ssente zaabulira ku luguudo lw'e Katosi -Mukono olwa kiromita ensavu mu ennya." }, { "english": "Med Kaggwa passed away on the twentieth of November two thousand nineteen.", "luganda": "Med Kaggwa yafa mu Gwekkumi na gumu nga abiri mu bbiri kkumi na mwenda." }, { "english": "Nearly five thousand people have died in a measles outbreak.", "luganda": "Abantu nga enkumi ttaano bafudde mu kubalukawo kwa Mulangira." }, { "english": "Four thousand seven hundred twenty-three deaths in the Democratic Republic of Congo.", "luganda": "Abafu bali enkumi nnya mu lusanvu mu abiri mu basatu mu Democratic Republic of Congo." }, { "english": "Children under the age of five accounted for almost seventy-five percent of infections.", "luganda": "Abaana wansi w'emyaka ettaano baweza kyenkana ebitundu nsanvu mu bitaano ku kikumi kubalwadde." }, { "english": "This year measles has more than tripled compared to two thousand eighteen.", "luganda": "Omwaka guno obulwadde bwa mulangira bwekubisizaamu emirundi esatu bw'ogeraageranya ne bbiri kkumi na munaana." }, { "english": "The Ebola outbreak killed two thousand one hundred ninety-three people this year.", "luganda": "Okubalukawo kwa Ebola kwatta abantu enkumi bbiri mu kikumi mu kyenda mu basatu omwaka guno." }, { "english": "Measles causes a runny nose sneezing and fever.", "luganda": "Obulwadde bwa mulangira buleeta okukulukuta eminyira okwasimula n'olusujjasujja." }, { "english": "The rash spreads across the body after its first appearance on the face.", "luganda": "Olutulututtu lusaasanira omubiri oluvanyuma lw'okulabika ku bwenyi." }, { "english": "Many other parts of the world suffer from a worryingly low vaccination rate.", "luganda": "Ebitundu ebirala bingi eby'ensi ebyeraliikiriza olw'okugemesa okutono." }, { "english": "Two separate doses of a measles-containing vaccine are necessary.", "luganda": "Ddoozi bbiri nga za njawulo ez'eddagala eririmu ka mulangira zetaagisa." }, { "english": "Print Media uses social media in communication.", "luganda": "Empapula z'amawulire zikozesa omutimbagano okutuusa obubaka." }, { "english": "The African tax bodies target online companies.", "luganda": "Ebitongole ebisoolooza omusolo mu Afirika bitunuulidde kkampuni za kumutimbagano." }, { "english": "It's simply putting China on the upper hand.", "luganda": "Kuteeka buteesi Kyayina ku ludda lwa waggulu." }, { "english": "China is simply expanding its dynasty in the long run.", "luganda": "China egaziya ettwaale lyayo mu bbanga eritali ly'ewala." }, { "english": "The Minister's mission is to cut down our efforts to serve the Kampala people.", "luganda": "Ekigendererwa kya Minisita kwe kukendeeza amaanyi gaffe okuweereza abantu b'e Kampala." }, { "english": "Irene Muloni denied the money scam involving the building of the bridge in Kamuli.", "luganda": "Irene Muloni yegaanye obubbi obuli mu kuzimba olutindo e Kamuli." }, { "english": "The Alliance for National Transformation Coordinator will not have his signature on the petition.", "luganda": "Omukwanaganya wa Alliance for National Transformation tajja kuteeka mukono ku kiwandiiko." }, { "english": "Kyagulanyi won the Young African Male Politician of the year two thousand nineteen awards.", "luganda": "Kyagulanyi yawangudde engule y'omuvubuka mu Afirika mu by'obufuzi mu mwaka nkumi bbiri mu mwenda." }, { "english": "The award was for the mentorship of upcoming journalists.", "luganda": "Ekirabo kyabadde kya kusomesa bannamawulire abakyakula." }, { "english": "The training facilities are to boost staff skills.", "luganda": "Awabangulirwa wa kuyitimusa kumanya kwa bakozi." }, { "english": "The training took part at the Ggaba Water Treatment plant in Kampala.", "luganda": "Okutendekebwa kwabadde Ggaba ku ssengejjero ly'amazzi mu Kampala." }, { "english": "We think this is not enough because we have more than three thousand people.", "luganda": "Tulowooza kino tekimala kuba tulina abantu abasoba mu nkumi essatu." }, { "english": "One hundred sixty-eight of the graduates are industrial plumbers.", "luganda": "Kikumi nkaaga munaana kubaatikkiddwa baakubeera mu by'amazzi g'amakolero." }, { "english": "The president took power over Uganda in nineteen eighty-six.", "luganda": "Pulezidenti yeddiza obuyinza mu Uganda mu lukumi mu lwenda kinaana mu mukaaga." }, { "english": "He aired his views in the wrong forum.", "luganda": "Ebirowoozo bye yabisoosotoledde ku lujjuliro lukyamu." }, { "english": "It culminated in his declaration.", "luganda": "Kyamutuusizza okwanja ekirangiriro kye." }, { "english": "Besigye has been constantly arrested and got blockades to his home.", "luganda": "Besigye lubeerera abadde akwatibwa n'okuziyizibwa okutuuka mu maka ge." }, { "english": "The construction of the bridge was for twenty-four billion shillings.", "luganda": "Okuzimba olutindo kyamazeewo obuwumbi abiri mu buna." }, { "english": "The meeting took place at the Uganda Manufacturer Association conference hall Lugogo.", "luganda": "Olukiiko lwatuula mu kibangirizi kya bannamakolero e Lugogo." }, { "english": "Gideon Bagawa said he is leaving the institution in good hands.", "luganda": "Gideon Bagawa yagambye nti alekulira ettendekero mu mikono mirungi." }, { "english": "He officially handed over to Elly Karuhanga.", "luganda": "Yawaddeyo obukulembeze mu butongole eri Elly Karuhanga." }, { "english": "Elly Karuhanga murmurs over Kadaga's trip to Museveni's ranch.", "luganda": "Ebya Kadaga okukyalako ku ddundiro lya Museveni bireetedde Elly Karuhanga okutolotooma." }, { "english": "Uganda's participation in the event will raise its profile.", "luganda": "Uganda okwenyigiramu kijja kujongera ettutumu." }, { "english": "In two thousand nine it became a weekly.", "luganda": "Mu nkumi bbiri mu mwenda kyafuuka kya buli wiiki." }, { "english": "Victor Bwire stated that journalists will be trained on the effects of climate change.", "luganda": "Victor Bwire yagambye nti bannamawulire bajja kuba batendekebwa ku mbeera z'obudde." }, { "english": "It is also incorporated into higher institutions of learning curricula across the region.", "luganda": "Kino kijja kusomesebwa mu matendekero gonna mu ggwanga." }, { "english": "The new development is intended to arm journalists with climate change knowledge.", "luganda": "Kino ekipya ekikoleddwa kigendereddwamu okubangula bannamawulire ku bikwatagana n'enkyukakyuka mu mbeera y'obudde." }, { "english": "It has an objective of fully developing and building the capacity of the Centre.", "luganda": "Kirina ekigendererwa ky'okukulaakulanya ate n'okuzimba obusobozi bw'ennyungiro oba bw'ekifo kino." }, { "english": "The Brigadier attributed to better diplomatic relations.", "luganda": "Buligeediya yakitadde ku nkolagana ey'omuggundu n'amawanga amalala." }, { "english": "The Netherlands donates thirty computers to Uganda People's Defense Force", "luganda": "Abanetherlandi bawadde eggye lya Uganda ebyuma bikalimagezi amakumi asatu." }, { "english": "The Criminal Investigation Department filed a case.", "luganda": "Ekiwayi ekikola ku kunoonyereza emisango kiwandiise omusango" }, { "english": "The appointment caused bickering among National Resistance Movement officials in Kampala.", "luganda": "Okujjuza ekifo kwaleetawo okunenengana mu bakulu mu nkambi ya National Resistance Movement." }, { "english": "President Museveni sidelined the officials in his plan to win over the ghetto.", "luganda": "Pulezidenti Museveni abayambi be abasudde muguluka mu ntegeka ze ez'okusikiriza abawangaalira mu bifo ebya bamufunampola mu bibuga." }, { "english": "The National Resistance Movement Party leaders wanted to discuss issues related to Kampala.", "luganda": "Abakulira ekibiina kya National Resistance Movement baayagadde okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezeekuusa ku Kampala." }, { "english": "The party leaders include; Uhuru Beti Kamya the minister for Kampala and Godfrey Nyakana.", "luganda": "Abakulembera ekibiina bali: Uhuru Beti Kamya minisita wa Kampala ne Godfrey Nyakana." }, { "english": "November twenty-nine to December fifth two thousand nineteen.", "luganda": "Ogwekkumi na gumu abiri mu mwenda okutuusa Ogwekkumi n'ebiri nga ttaano nkumi bbiri kkumi na mwenda." }, { "english": "The data center is scheduled to launch in the first quarter of the year two thousand twenty.", "luganda": "Ennyungiro y'ebibalo etegese okutongoza ekitundu kimu kyakuna eky'omwaka bbiri abiri." }, { "english": "Highlighting the mutual benefit of the partnership.", "luganda": "Okunokolayo emiganyulo emikulu mu nkwatagana." }, { "english": "The data center will operate according to tier three standard facilities.", "luganda": "Ennyungiro y'ebibalo ejja kuddukanyizibwa nga yeesigamiziddwa ku masiga asatu agafuga ekakkalabizo nga lino." }, { "english": "The brewery company uses the water in the production processes.", "luganda": "Kkampuni y'omwenge ekozesa amazzi ng'ekola omwenge." }, { "english": "The Water Recovery Plant is to aid in the water usage target.", "luganda": "Ekyuma ekikekkereza amazzi kyakuyamba mu nkozesa y'amazzi." }, { "english": "Recently the brewery used four-point nine liters of water per liter of beer.", "luganda": "Jjuuzi wano ekitongole ekikola omwenge kyakozesa liita nnya n'obutundutundu mwenda obw'amazzi ku buli liita ya bbiya." }, { "english": "The company will minimize the amount of water that we already use.", "luganda": "Kkampuni ejja kukendeeza ku bungi bw'amazzi ge tuba tumaze okukozesa." }, { "english": "Officials at the launch of the water recovery plant.", "luganda": "Abakungu bali ku mukolo gw'okuggulawo ekyuma ekikekkereza amazzi." }, { "english": "Were you aware of the humor?", "luganda": "Akaccamukiriro wakategeerako?" }, { "english": "The measles outbreak is in the Democratic Republic of Congo.", "luganda": "Obulwadde bw'olukusense bubaluseewo mu Congo." }, { "english": "It is the world's largest and fastest-moving measles epidemic.", "luganda": "Y'ensi ekyasinze okusaasaanya ekirwadde ky'olunkusense mu bwangu ddala." }, { "english": "Nearly ninety percent of death caused by measles.", "luganda": "Okutuukira ddala ku bantu kyenda ku kikumi abafa bafa bulwadde bwa lunkusense." }, { "english": "The United Nations Children's Fund stated in its statement in October.", "luganda": "Ekitongole ky'amawanga amagatte ekiwa abaana obuyambi kyakyogerako mu kwogera kwakyo mu Gwekkumi." }, { "english": "The two doses will effectively prevent a mass outbreak.", "luganda": "Enzijjanjaba bbiri zijja kugema okusaasaana kw'obulwadde." }, { "english": "The Independent Magazine Uganda costs five thousand Ugandan shillings.", "luganda": "Akatabo akalimu ameefuga ga Uganda kagula enkumi taano eza Uganda." }, { "english": "Museveni commissions Uganda's first mobile phone factory.", "luganda": "Museveni yatongoza ekkolero ly'amasimu g'omungalo agaasooka mu Uganda." }, { "english": "Mugisha Muntu is on a petition to indict president Museveni.", "luganda": "Mugisha Muntu ateekateeka okuwawaabira Pulezidenti Museveni." }, { "english": "The African Leaders Summit organized the awards in Accra Ghana.", "luganda": "Olukiiko lw'abakulembeze Abafirika lwateekateeka ebirabo mu Accra Ghana." }, { "english": "The Media Challenge Awards were held at Serene Hotel on November twenty-fourth.", "luganda": "Ebirabo by'empaka z'empuliziganya byategekebwa ku wooteri ya Serena nga abiri mu nnya omwezi Ogwekkumi na gumu." }, { "english": "Mugisha added that the corporation is adding more training outlets.", "luganda": "Mugisha Muntu yayongeddeko nti ekitongole kijja kwongera ku bungi bw'ebifo omutendekerwa." }, { "english": "The graduation attracted eighteen industrial plumbers at level three diploma", "luganda": "Amatikkira gaasikirizza ba makanika b'amazzi kkumi na munaana ku ddaala lya dipulooma eyokusatu." }, { "english": "Elly Karuhanga is the new chairman of the Private Sector Foundation Uganda.", "luganda": "Elly Kauhanga ye ssentebe wa Private Sector Foundation Uganda omuggya." }, { "english": "National Water and Sewerage Corporation will fix the water pipes next week", "luganda": "Ekitongole ky'amazzi kijja kuzzaawo emidumu gy'amazzi wiiki ejja." }, { "english": "Assembling a product in Uganda means it wasn't made in Uganda", "luganda": "Okupangapanga ekintu mu Uganda kitegeeza nti tekyakolebwa mu Uganda." }, { "english": "How is the ministry going to handle the discarding of phone batteries", "luganda": "Minisitule egenda kukola etya eky'amanda g'essimu agaasuulibwasuulibwa?" }, { "english": "Graphite in batteries degrades the environment when batteries are improperly disposed", "luganda": "Oluyinjayinja oluva mu manda g'amasimu lukosa nnyo embeera y'ensi buli manda ago lwe gamala gasuulibwasuulibwa." }, { "english": "toxicities are going to rise as phones are sold cheaply on the market", "luganda": "Obutwa bugenda kweyongera olw'okutunda amasimu ku ssente entono." }, { "english": "Rising phone toxicities puts Ugandans at risk of cancer infection", "luganda": "Obutwa bw'amasimu okweyongera buteeka Bannayuganda mu katyabaga k'okufuna obulwadde bwa kookolo." }, { "english": "put in place ways to recycle the hazardous material from digital devices once dumped", "luganda": "Wassibwewo enkola ezikyusakyusa ebintu eby'obutwa ebiva mu masimu ag'omu ngalo n'ebyuma ebirala bwe bigwa mu ttuluba erimu nga bikolwamu ebintu ebirala ebyomugaso." }, { "english": "Uganda's first mobile phone has been commissioned by Museveni", "luganda": "Essimu eyomungalo eyasooka mu Uganda yatongozebwa Museveni." }, { "english": "We need to be patient as we work towards improving our livelihoods", "luganda": "Twetaaga obugumiikiriza wakati mu kukulaakulanya ebyobulamu." }, { "english": "A developing country like Uganda should focus on industrialization to create jobs", "luganda": "Ensi ekyakulaakulana nga Uganda yeetaaga okussa essira ku makolero okutondawo emirimu." }, { "english": "some media platforms and some opposition leaders have criticized Makerere University Kampala", "luganda": "Egimu ku mikutu gi mugattabantu n'abamu ku bakulembeze ku ludda oluvuganya banenyezza Ssettendero wa Makerere Kampala." }, { "english": "Some opposition leaders are relating the recent fire at Makerere University to politics", "luganda": "Abamu ku bakulembeze b'oludda oluvuganya beesigamya omuliro ogwakabaawo ku Ssettendekero e Makerere ku byobufuzi." }, { "english": "The leaders are leading to the failure of the university", "luganda": "Abakulembeze be bakulembera ku kulemererwa kwa Ssettendekero." }, { "english": "The students are doing their best to see to it that the University functions to its best", "luganda": "Abayizi bakola ekisoboka okulaba nga Ssettendekero ekola bulungi." }, { "english": "Makerere University has been ranked third in the top 40 universities in Sub-Saharan Africa", "luganda": "Ssettendekero wa Makerere alondeddwa nga owookusatu mu zi settendekero amakumi ana agasinga mu Sub-Sharan Afirika." }, { "english": "Makerere University has conducted some of the best research in Africa", "luganda": "Ssettendekero wa Makerere akungaanyizza okumu ku kunoonyereza okusinga mu Afirika." }, { "english": "Government should inject more money into University research", "luganda": "Gavumenti erina okwongera okuteeka ssente mu kunoonyereza kwa ssettendekero." }, { "english": "strikes and accusations from the opposition being politicized need to stop in Makerere", "luganda": "Okwekalakaasa n'obwegugungo okuva ku ludda oluvuganya mu byobufuzi byeetaaga okukomezebwa mu Makerere." }, { "english": "Ugandans should see Makerere as a historical institution", "luganda": "Uganda erina okulaba Makerere nga ssettendekero w'ebyafaayo." }, { "english": "Makerere University is not a common university due to its history", "luganda": "Ssettendekero wa Makerere si ssettendekero amanyikiddwa ennyo okusinziira ku byafaayo bye." }, { "english": "Makerere University has notable alumni in leadership positions", "luganda": "Ssettendekero wa Makerere afulumizza abali mu bifo ebyobukulembeze." }, { "english": "Uganda Energy Minister denies Isimba Dam bridge money was stolen", "luganda": "Minisita wa Uganda ali ku nsonga z'amasannyalaze agaana ebya ssente z'okuzimba Isimba Dam okubibbwa." }, { "english": "Denying theft of public funds doesn't mean the minister supports the action", "luganda": "Okwegaana eky'okubba obuyambi bwa gavumenti tekitegeeza nti minisita awagira ekikolwa." }, { "english": "Speaker of Parliament Rebecca Kadaga can order an inquiry if she has credible evidence", "luganda": "Omukubiriza wa Paalamenti Rebecca Kadaga asobola okulagira okubuuliriza bwaba alina obujulizi obwenkukunala." }, { "english": "The government is not run by responding to all sorts of allegations", "luganda": "Gavumenti teddukanyizibwa ng'eddamu byonna ebiteeberezebwa." }, { "english": "Allegations should be backed up by credible evidence", "luganda": "Ebiteeberezebwa birina okubaako obujulizi obwenkukunala." }, { "english": "Baseless allegations lead to loss of critical time", "luganda": "Ebiteeberezebwa nga tebiriiko we bisinziira byonoona obudde." }, { "english": "Mobile phone factory is an opportunity to improve the livelihoods of youth", "luganda": "Amakolero g'amasimu agomungalo gayambye ku mbeera y'abavubuka." }, { "english": "The Bombo group now wallows in poverty and zero recognition", "luganda": "Akabinja akaali ak'ekinywi ky'e Bombo kati katubidde mu bwavu era kati tebakyalina ttutumu lyonna." }, { "english": "Oyite Ojok is remembered for have displayed impunity and murdering at will", "luganda": "Oyite Ojok ajjukirwa olw'okwolesa omutima omubi era n'attibwa ng'ayagadde." }, { "english": "Life is unpredictable so we should be kind to one another", "luganda": "Obulamu si bwangu bwa kuteebereza nolwekyo tulina okubeera abantubalamu eri bannaffe." }, { "english": "Janani Luwum's children are known to have good postings in government", "luganda": "Abaana ba Janani Luwum bamanyiddwa okuba n'ebifo ebirungi mu gavumenti." }, { "english": "Janani Luwum is considered a martyr in Uganda", "luganda": "Janani Luwum atwalibwa nga omujulizi mu Uganda." }, { "english": "Change of regime affects the outgoing leaders as most go into exile", "luganda": "Okukyusa ekisanja kikosa abakulembeze abavaako kuba abamu bagenda mu buwanganguse." }, { "english": "The Minister of Energy's silence to Kadaga's concern raised suspicion of corruption", "luganda": "Okusirika kwa Minisita w'ebyamasannyalaze ku nsonga ya Kadaga kwayimusa okwekengera ku buli b'wenguzi." }, { "english": "Mineral Development Beneficiation Center will help Uganda produce hardware parts needed in phone making", "luganda": "Ekitongole kya Mineral Development Beneficiation Center kijja kuyamba Uganda okufulumya okukola amasimu." }, { "english": "Christopher Bagamba hopes we can make phone parts in future", "luganda": "Christopher Bagamba asuubira nti tusobola okukola ebitundu by'amasimu mu biseera byommaaso." }, { "english": "Former Deputy Prime Minister Henry Kajura is in financial trouble", "luganda": "Eyali omumyuka wa Ssaabaminisita Henry Kajura ali mu buzibu bwa ssente." }, { "english": "Former politicians lose property to money lenders and banks for failure to pay loans.", "luganda": "Bannabyabufuzi abaavaako bafiirwa ebintu byabwe ku bawozi ba ssente ne bbanka oluvannyuma lw'okulemerera okuzisasula." }, { "english": "It's shocking when a long-serving cabinet member loses a house due to debts.", "luganda": "Kikuba encukwe nga mmemba aludde ng'aweereza eggwanga afiirwa amaka ge ku lw'amabanja." }, { "english": "Kajura isn't the only former politician to find himself in financial trouble.", "luganda": "Kajura si ye munnabyabufuzi yekka eyaliko okwesanga ng'ali mu buzibu bwa ssente." }, { "english": "There's a long list of politicians who move from cabinet/parliament to economic stress.", "luganda": "Waliwo olukalala oluwanvu olwa bannabyabufuzi okuva mu lukiiko lw'eggwanga abali mu kweraliikirira kw'ebyensimbi." }, { "english": "people see politicians as corrupt and therefore rich but this isn't always the case.", "luganda": "Abantu balaba bannabyabufuzi nga abali b'enguzi nolwensonga eyo baba bagagga naye kino si bwekiba." }, { "english": "It is not true that every politician is financially stable.", "luganda": "Si kituufu nti buli munnabyabufuzi ali bulungi mu mbeera y'ensimbi." }, { "english": "The public misunderstands corruption by thinking all government officials are rich", "luganda": "Abantu bategeera bubi enguzi nga balowooza nti bonna abakungu ba gavumenti bagagga." }, { "english": "People look at joining politics as a way of accumulating personal wealth.", "luganda": "Abantu balaba okuyingira mu byobufuzi nga ekkubo eribaleetera okwegaggawaza." }, { "english": "Corruption is the way political power in poor countries is organized.", "luganda": "Obuli bw'enguzi ye ngeri obuyinza mu by'obufuzi gye butwalibwamu mu nsi enjavu." }, { "english": "Corruption helps politicians build constituencies of support by accumulating quick wealth.", "luganda": "Obuli bw'enguzi buyamba bannabyabufuzi okusobola okufuna obuyambi eri abantu baabwe be bakulembera nga bafuna ebyobugagga mu bwangu ddala." }, { "english": "Politicians tighten their grip on power by constantly giving out money to their constituents.", "luganda": "Bannabyabufuzi beenywereza mu buyinza nga bagabira abalonzi baabwe ensimbi lubeerera." }, { "english": "We should understand how power is organized and exercised in a poor country.", "luganda": "Tulina okutegeera engeri obuyinza gye butwalibwamu n'okukolebwamu mu nsi enjavu." }, { "english": "Most African countries are ethnically and religiously diverse.", "luganda": "Amawanga ga Afirika agasinga gakyusibwa obuwangwa n'amadiini." }, { "english": "Many African countries are poor hence heavily dependent on Western financial assistance.", "luganda": "Ensi nnyingi njavu mu Afirika era zibeerawo ku buyambi okuva mu nsi z'ebweru." }, { "english": "Religious and ethnic divisions create strong moral and psychological attachment identity among Africans", "luganda": "Enjawulo mu madiini n'obuwangwa bitondawo enjawulo y'amaanyi nnyo mu mpisa n'endowooza z'Abafirika." }, { "english": "a political party must win over influential pillars of opinion in ethnic and religious groups", "luganda": "Ekibiina ky'ebyobufuzi kirina okuwangula endowooza eri mu bantu ku ddiini n'obuwangwa." }, { "english": "Powerful pillars of opinion include traditional leaders successful businesspersons and religious clerics", "luganda": "Empagi enkulu mu kuwa ebirowoozo ze zino: Abakulembeze b'ennono bannabyabusuubuzi abatutumufu n'abakulembeze b'amadiini." }, { "english": "Religious leaders act as a bridge between the president and the religious community", "luganda": "Abakulembeze b'amadiini bakola ng'olutindo okugatta omukulembeze w'eggwanga ne banaddiini." }, { "english": "Ugandans seeing their own in a high government office is an expression of their presence in government", "luganda": "Bannayuganda okweraba mu woofiisi eza waggulu kiraga okwenyigira kwabwe mu gavumenti." }, { "english": "power-sharing gives the people a sense of belonging to the nation", "luganda": "Engabanya y'obuyinza ewa abantu endowooza nti eggwanga lyabwe." }, { "english": "The president has over 100 presidential advisors", "luganda": "Omukulembeze w'eggwanga alina abamuwa amagezi abasukka mu kikumi." }, { "english": "Patronage is used by Museveni to deprive the opposition of high profile individuals", "luganda": "Museveni akozesa okwesukkulumya okusobola okukakkanya bannabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya." }, { "english": "opposition explains why it cannot find enough high profile individuals to field in parliamentary elections", "luganda": "Aboludda oluvuganya balaga nga tebalina kifaananyi kimala kusobola nkola za paalamenti." }, { "english": "Successful politicians are those who meet cultural obligations in their communities", "luganda": "Bannabyabufuzi abawanguzi beebo abatuukiriza ebyobuwangwa byabwe mu bitundu gye basinziira." }, { "english": "Politicians meet their constituents financial needs by paying fees and medical bills for some", "luganda": "Bannabyabufuzi batuukiriza ebyetaago by'abantu baabwe abaabalonda nga basasulirako abamu ebisale by'essomero n'ebisale by'eddwaliro." }, { "english": "There is inequality of wealth and income in poor communities", "luganda": "Waliwo obutali bwenkanya mu byobugagga ne ssente mu bitundu omuli abantu abaavu." }, { "english": "politicians cultivate a political following by attending burial ceremonies", "luganda": "Bannabyabufuzi bafuna nnyo abagoberezi nga beetaba mu kuziika abafu." }, { "english": "Most politicians use the personal income to meet their constituents financial needs", "luganda": "Bannabyabufuzi abasinga bakozesa nsimbi zaabwe okutuukiriza ebyetaago by'abantu baabwe." }, { "english": "Politicians in control of the state use public funds to meet constituents financial needs", "luganda": "Bannabyabufuzi abafuga ensi bakozesa ensimbi za gavumenti okutuukiriza ebyetaago by'abantu baabwe be bakulembera." }, { "english": "legislators are constantly met with demands for financial assistance from their poor constituents", "luganda": "Ababaka ba paalamenti basanga nnyo obuzibu bw'ebyensimbi olw'obwavu obuli mu bintundu bye baakikirira." }, { "english": "Ordinary constituents have a concept that their legislator is a financial helper", "luganda": "Abantu abasinga abakiikirirwa balina endowooza nti omubaka waabwe ye muyambi waabwe mu by'ensimbi." }, { "english": "Legislators are seen as rich and generous in rural communities.", "luganda": "Ababaka ba paalamenti balabibwa nga abagagga era abagabi ennyo mu bantu b'omu byalo." }, { "english": "Generosity takes a large share of a politician's income.", "luganda": "Obuntubulamu oba okuba n'omutima omugabi kitwala kinene nnyo ku byenfuna bya bannabyabufuzi." }, { "english": "You have to share your wealth with people to succeed politically", "luganda": "Olina okugabana ebyobugagga byo n'abantu okusobola okuba omuwanguzi mu byobufuzi." }, { "english": "Legislators are unable to meet individual constituent financial demands on their income.", "luganda": "Abakiise mu paalamenti tebasobola kutuukiriza byetaago by'abantu baabwe ku nsimbi zaabwe ze bafuna." }, { "english": "The state cannot provide a large basket of public goods and services to constituents.", "luganda": "Ensi tesobola kuteekawo bintu bikozesebwa bingi n'obuweereza bwonna eri abantu." }, { "english": "The resources available to the individual politician and to the state are different.", "luganda": "Ebyokukozesa ebiriwo ku munnabyabufuzi ng'omuntu n'abantu byanjawulo." }, { "english": "politicians borrow to endear themselves to voters by exhibiting exaggerated generosity", "luganda": "Bannabyabufuzi bateeka nnyo amaanyi mu kweraga nga baagala okugula obuganzi mu balonzi." }, { "english": "over half of our legislators have their salary cut to pay off their loans", "luganda": "Ekitundu ku bakiise baffe ssente zaabwe zisalibwako okusasula ssente za bbanka ze beewola." }, { "english": "Politicians expect to pay their loans through corruption on being appointed to cabinet", "luganda": "Bannabyabufuzi baasuubira okusasula amabanja gaabwe nga bayita mu kulya enguzi." }, { "english": "legislators get bribes from other thieving public officials in exchange for covering up their theft", "luganda": "Abakiise bafuna okugulirwa okuva mu bakungu ba gavumenti nga bababikkirira obubbi bwabwe." }, { "english": "We are deluded expecting parliament to act as a check on the executive", "luganda": "Tulina essuubi eritaliiyo nti Paalamenti egenda kukola obwa kalondoozi mu bakulembeze." }, { "english": "Not every legislator can be appointed to cabinet", "luganda": "Si buli mukiise nti alondebwa ku kakiiko ka Paalamenti." }, { "english": "Politics involves making risky bets when one takes a loan expecting a cabinet position", "luganda": "Ebyobufuzi birimu okukola akazannyo k'okwewaayo singa omu yeewola ssente mu bbanka ng'alowooza nti agenda kugenda ku kakiiko akateeseza eggwanga." }, { "english": "Those who lose elections find themselves unable to repay their debts hence bankruptcy", "luganda": "Abo abafiirwa mu bululu beesanga nga tebasobola kusasula mabanja ga nsimbi ze beewola ekibaviiramu okubawambako ebyabwe." }, { "english": "A president has to create opportunities for his party members to make money", "luganda": "Omukulembeze w'eggwanga alina okutondawo emikisa eri abantu b'ekibiina kye okukola ssente." }, { "english": "A Minister is expected to help his constituents find jobs", "luganda": "Minisita asuubirwa okuba ng'asobola okuyamba abantu be okufuna emirimu." }, { "english": "Corruption is not an Africa only problem as western nations face it too", "luganda": "Obuli bw'enguzi si kizibu kya Afirika yokka naye n'amawanga ag'ebweru gakisanga." }, { "english": "Governments in poor countries use corruption to consolidate power", "luganda": "Gavumenti mu nsi enjavu zeeyambisa buli bwanguzi okuyimirizaawo obuyinza." }, { "english": "read the history of Europe in the 19th century to learn about corruption", "luganda": "Soma ebyafaayo bya Europe mu kyasa ky'ekkumi n'omwenda oyige ku buli bw'enguzi." }, { "english": "Corruption is the way the governance system works in Uganda", "luganda": "Obuli bw'enguzi y'engeri enkola ya gavumenti gy'etambulamu mu Uganda." }, { "english": "Politicians use corruption to build electoral and governing coalitions", "luganda": "Bannabyabufuzi bakozesa enguzi okuzimba emikago egy'ebyokulonda n'obukulembeze." }, { "english": "We have criminalized ways of managing power relations in Uganda", "luganda": "Tulina enkola ez'obumenyi bw'amateeka ze tukwasaganyaamu obuyinza mu Uganda." }, { "english": "Corruption is an obstacle to the development of a modern state", "luganda": "Obuli bw'enguzi muziziko eri eggwanga okukulaakuna." }, { "english": "Historically corruption has not stopped economic development", "luganda": "Okusinziira ku byafaayo obuli bw'enguzi tebukomezza nkulaakulana mu byenfuna." }, { "english": "Modern meritocratic states grow inside the womb of patrimonial ones", "luganda": "Amawanga agazimbibwa ku busobozi gakuze mu bufuzi obwensikirano." }, { "english": "Economic growth and societal structural transformation change the old system of governance", "luganda": "Enkulaakulana mu byenfuna ne mu bizimbe ekyusa enkola ya gavumenti enkadde." }, { "english": "A quick transformation to a modern meritocratic state is nearly impossible.", "luganda": "Okwanguwa okutuuka ku kuzimba amawanga ku busobozi bwaffe kisemberedde obutasoboka." }, { "english": "Revolutions don't always bring economic and social transformation as expected.", "luganda": "Enkyukakyuka ez'omuggundu tezitera kuleetawo kweyubula mu byanfuna na mu mbeera z'abantu nga bwe kisuubirwa." }, { "english": "East African countries spend more on defense than any other sector of government.", "luganda": "Ensi za East Afirika zisaasaanya nnyo ku bukuumi okusinga ekintu ekirala kyonna." }, { "english": "Uganda Rwanda and Burundi are experiencing tense political cross-border situations.", "luganda": "Uganda Rwanda ne Burundi ziyita mu byobufuzi ebifaanagana." }, { "english": "Uganda's military expenditure has exponentially increased in twenty-eighteen.", "luganda": "Ensasaanya ya ssente ey'amagye ga Uganda erinnye nnyo mu nkumi bbiri kkumi na munaana." }, { "english": "Branding a product made in Uganda doesn't necessarily mean it was made here.", "luganda": "Okuddira ekintu n'oteekako nti kyakolebwa mu Uganda tekitegeeza nti ddala kyakolebwa wano." }, { "english": "Improper disposal of phone batteries has a negative impact on the environment.", "luganda": "Okumala gasuulasuula amanda g'amasimu kirina obulabe bwe kiteeka ku bintu ebitwetoolodde." }, { "english": "Toxicities from phone batteries affect the livelihood of Ugandans", "luganda": "Obutwa obuva mu manda g'amasimu bukosa obulamu bwa Bannayuganda." }, { "english": "Uganda's first mobile factory is to provide more jobs for the youth", "luganda": "Ekkolero ly'amasimu erya Uganda erisooka lya kwongera kuwa bavubuka mirimu." }, { "english": "Economic development doesn't happen overnight so patience is key", "luganda": "Enkulaakulana mu byenfuna tejja mu kiro kimu sso obuguumiikiriza kye kisumuluzo." }, { "english": "The University council should work with students for the University to function to its best", "luganda": "Akakiiko ka ssettendekero kalina kukolera wamu n'abayizi ssettendekero okusobola okutambula obulungi." }, { "english": "Makerere University Council should listen to student requests and needs and work with them", "luganda": "Akakiiko ka ssettendekero wa Makerere akabuulirira kalina okuwuliriza abayizi bye basaba n'ebyetaago era n'okukola nabo." }, { "english": "Credible evidence is needed on the Isimba Dam corruption scandal", "luganda": "Obujulizi obwenkukunala bwetaagisa ku bigambibwa okulya enguzi mu kuzimba ddaamu ya Isimba." }, { "english": "Not a single family member of Oyite Ojok is traceable to any serious activity", "luganda": "Teri muntu n'omu okuva mu b'enganda za Oyite Ojok alabwako ng'alina omulimu gw'akola ogutegeerekeka." }, { "english": "The Mineral Development Beneficiation Center will be one of its kind in Ntungamo District", "luganda": "Ekitongole kya Mineral Development Beneficiation Centre kye kijja okuba ekisookedde ddala mu disitulikiti y'e Ntungamo." }, { "english": "Many politicians go broke after leaving the cabinet", "luganda": "Bannabyabufuzi bangi baavuwala nga bavudde ku kakiiko ka paalamenti." }, { "english": "A president must win over powerful pillars of opinion in religious groups to keep in power", "luganda": "Omukulembeze w'eggwanga alina okuwangula empagi enkulu ez'amaanyi mu kuwa ebirowoozo mu bibinja by'amaddiini okusobola okwekuumira mu buyinza." }, { "english": "Tribal leaders can win favor amongst their communities for the ruling party", "luganda": "Abakulembera amawanga basobola okuwangula obuganzi okuva mu bitundu byabwe ku kibiina ekiri mu buyinza." }, { "english": "A power-sharing feeling is felt when a tribe has enough representation in government", "luganda": "Okugabana obuyinza kiwulirwa nga eggwanga lirina abalikiikirira abawera mu gavumenti." }, { "english": "Power-sharing legitimizes the state", "luganda": "Okugabana obuyinza kutambuliza eggwanga ku mateeka." }, { "english": "Uganda has over two hundred forty Resident District Commissioners", "luganda": "Uganda erina abakiikirira Pulezidenti ku disitulikiti abasukka mu bibiri ana." }, { "english": "Museveni uses high profile individuals to rally a mass political base", "luganda": "Museveni akozesa abantu ab'amannya okuggumiza enkungaana z'obufuzi." }, { "english": "The opposition faces a big challenge of Museveni appointing most high profile individuals", "luganda": "Abooludda oluvuganya basanga okusoomozebwa kwa Museveni okulonda abantu abalina amannya oba abatutumufu." }, { "english": "Attending religious services and ceremonies is an effective way of rallying political support", "luganda": "Okugenda mu kusaba mu ddiini ne ku mikolo kye kintu ekisinga obwangu okunoonyezaako obululu." }, { "english": "Generous contributions to funerals and weddings are a way of gaining political support", "luganda": "Okuwa obuyambi mu kufiirwa n'embaga ngeri ezikuyamba okufuna abawagizi." }, { "english": "Legislators find it hard to save as they're always financially assisting constituents", "luganda": "Abakiise ba Paalamenti bakisangamu obuzibu okweterekera ensimbi kubanga baba bayamba abaabalonda." }, { "english": "Ministers pay for constituents' expenses which result in corruption", "luganda": "Baminisita bakozesa ssente zaabwe ku nsonga z'ebitundu bye bakiikirira ekireetera obuli bw'enguzi okubaawo." }, { "english": "The Ministry has a challenge of monitoring the proper disposal of phone batteries", "luganda": "Minisitule erina okusoomoozebwa kw'okulondoola ensuula y'amanda g'essimu." }, { "english": "Uganda has about one hundred and fifty semi-autonomous government agencies", "luganda": "Uganda erina ebibiina ebikunuukiriza mu kikumi ataano nga bisobola okweyimirizaawo." }, { "english": "Weddings and funerals are used as campaign platforms by most politicians", "luganda": "Embaga n'emikolo gy'okuziika gikozesebwa nga akatuuti k'okunoonyezaako obululu eri bannabyabufuzi abasinga." }, { "english": "Corrupt politicians remain popular because they share their \"loot\" with their co-ethnics", "luganda": "Bannabyabufuzi abalya enguzi basigala nga baganzi kubanga bagabana omunyago gwabwe ne bannamawanga bannaabwe." }, { "english": "The politician helps people with personal needs like school fees medical bills and funerals.", "luganda": "Munnabyabufuzi ayamba abantu n'ebyetaago nga ebisale by'essomero eby'eddwaliro n'okuziika." }, { "english": "Our politicians are always under enormous pressure to meet these needs.", "luganda": "Bannabyabufuzi baffe babeera mu kunyigirizibwa okutuukiriza ebyetaago." }, { "english": "This is because our voters do not distinguish.", "luganda": "Kino kiri bwe kiti kubanga abalonzi baffe tebaawula." }, { "english": "Corruption is therefore a forbidden practice.", "luganda": "Obuli bwenguzi nolwekyo kikolwa ekigaanibwa." }, { "english": "Corrupt politicians who are generous in their ethnic or religious communities win elections.", "luganda": "Bannabyabufuzi abalya enguzi nga bagabi eri bannamawanga bannaabwe oba eddiini bawangula okulonda." }, { "english": "People are even more willing to support one of their own.", "luganda": "Abantu beetegefu na nnyo okuwagira owaabwe." }, { "english": "Ethnic tensions undermine the rule of law.", "luganda": "Okutya okwesigamizibwa ku mawanga tekuwa mwangaanya kutuuza nkiiko." }, { "english": "India has the longest surviving democracy of any poor country in the world today.", "luganda": "Leero Buyindi y'esinga demokolasiya asinze okuwangaala mu mawanga amaavu gonna mu nsi." }, { "english": "Twenty percent of candidates for parliament were facing criminal charges.", "luganda": "Abeesimbawo ku bubaka wab Paalamenti baali bavunaanibwa emisango." }, { "english": "This number has been growing at a rate of two percent in every election.", "luganda": "Omuwendo guno gubadde gulinnya ebitundu bibiri ku kikumi mu buli kulonda." }, { "english": "As a result one-third of India's parliament is under criminal indictment.", "luganda": "Nolwekyo kimu kya kusatu ku paalamenti ya Buyindi bali mu kunoonyerezebwako olw'obuzzi bw'emisango." }, { "english": "The report said that the money had been embezzled.", "luganda": "Alipoota eraga nti ensimbi zaali zikumpanyiziddwa." }, { "english": "Uganda is headed in the same direction as democratic competition deepens.", "luganda": "Uganda eyolekedde ekkubo lye limu kuba okuvuganya mu demokolasiya kweyongedde." }, { "english": "Over the last twenty-five years of electoral politics we have seen honest politicians.", "luganda": "Okumala emyaka abiri mu etaano egy'okulonda kw'ebyobufuzi tulabye bannabyabufuzi abeesimbu." }, { "english": "This is because they are not willing to dirty their hands looting the state.", "luganda": "Kino kiri bwekiti kubanga si beetegefu kuddugaza ngalo zaabwe nga banyaga eggwanga." }, { "english": "The problem is that there are many crooks ready to join.", "luganda": "Ekizibu kiri nti waliwo abatali beesimbu bangi abeetegefu okwegattako." }, { "english": "In rich countries the private sector is rich enough to fund parties.", "luganda": "Mu nsi engagga abantu abeekozesa bagagga ekimala okuvujjirira ebibiina." }, { "english": "There are also many rich individuals and private organizations/foundations to do similar.", "luganda": "Waliwo n'abagagga ssekinnoomu n'ebitongole eby'obwannakyewa okukola ekintu kye kimu." }, { "english": "The private sector is small and most rich individuals are beholden to the state.", "luganda": "Abantu abeekozesa batono era abantu abasinga obugagga bali mu gavumenti." }, { "english": "There are limited opportunities outside the state to sponsor an effective opposition.", "luganda": "Waliwo omwagaanya mutono nnyo wabweru wa gavumenti okuvujjirira okuvuganya okulungi." }, { "english": "Therefore the only reliable source of political money is corruption.", "luganda": "N'olw'ekyo oluwenda lwokka olwesigika okufunamu ssente z'ebyobufuzi kulya nguzi." }, { "english": "Consequently corruption is not just a means for individual enrichment.", "luganda": "Nolwekyo enguzi si ngeri ya muntu kwegaggawaza kyokka." }, { "english": "That is only its overt manifestation.", "luganda": "Eyo y'engeri yaakyo ennambulukufu gye kyeyolekamu." }, { "english": "Fundamentally it is a system of cultivating and maintaining a political following.", "luganda": "Mu ngeri eyomugaso nkola ey'okutandikawo n'okukuumira abagoberezi mu byobufuzi." }, { "english": "This is why we need to understand even though we may refuse to endorse Museveni.", "luganda": "Eno y'ensonga lwaki twetaaga okutegeera wadde nga tuyinza okugaana okusemba Museveni." }, { "english": "Our president moves with cash-stuffed envelopes which he liberally hands over to people", "luganda": "Pulezidenti waffe atambula n'amabaasa agajjudde ssente g'awa abantu mu mateeka." }, { "english": "The young Museveni would have been revolted by this crass bribery and political opportunism.", "luganda": "Museveni omuto abadde avumirirwa olw'okugaba ennyo enguzi n'okukozesa embeera y'ebyobufuzi." }, { "english": "He has outlived many of his bush compatriots in large.", "luganda": "Awangadde okusinga bannansiko banne bangi okutwaliza awamu." }, { "english": "Many Ugandans accept his transformation with the humility of experience.", "luganda": "Bannayuganda bangi bakkiriza enkyukakyuka ye n'ebirabibwako ebirungi." }, { "english": "With this knowledge we can craft a political model.", "luganda": "N'amagezi gano tusobola okuteekawo oluwenda mu byobufuzi." }, { "english": "Most of the people who get elected to public office have little incentive.", "luganda": "Abantu abasinga abalondebwa mu woofiisi za gavumenti balina ebibazzaamu amaanyi bitono." }, { "english": "Their success shows they are beneficiaries of the system.", "luganda": "Obuwanguzi bulaga nti baganyuddwa mu nkola." }, { "english": "It would literally be like asking them.", "luganda": "Ku ngulu kyandibadde nga okubabuuza." }, { "english": "Money politics is not a cause of our poverty but a symptom of it.", "luganda": "Ssente z'ebyobufuzi si ze zireeta obwavu naye ekibwoleka." }, { "english": "It does not mean that we cannot outgrow it", "luganda": "Tekitegeeza nti tetusobola kubulwanyisa." }, { "english": "The United States had a very corrupt political machine system.", "luganda": "United States yalina enkola y'ebyobufuzi efumbekeddemu ennyo enguzi." }, { "english": "The country remains saddled with a lot of political corruption.", "luganda": "Eggwanga lisigala nga lifumbekeddemu nnyo enguzi mu byobufuzi." }, { "english": "Up until the end of the nineteenth century when America was poor and agrarian.", "luganda": "Okutuuka ku nkomerero y'ekyasa ky'ekkumi n'omwenda America yali njavu era nga eyimiriddewo ku bulimi." }, { "english": "Early efforts to criminalize vote-buying in the United States of America were resisted.", "luganda": "Kaweefube eyasooka mu United States of America okuvunaana abagulirira abalonzi yalemesebwa." }, { "english": "Whichever political reform we attempt it won't eliminate the centrality of money in politics.", "luganda": "Buli ngeri yonna gye tugezaako mu byobufuzi tejja kumalawo bukulu bwa ssente mu byobufuzi." }, { "english": "It can only limit it with tradeoffs.", "luganda": "Ky'esobola kuziremesa kwonooneka kyokka." }, { "english": "Will Durant said there are only three successful forms of government known to man.", "luganda": "Will Durant yagamba nti waliwo enkola za gavumenti ssatu zokka omuntu z'amanyi." }, { "english": "One way to limit vote-buying is to introduce proportional representation.", "luganda": "Emu ku ngeri z'okukendeeza okugulirira abalonzi kwe kuwa ebitundu abakiise ab'enkanankana." }, { "english": "Here political parties not individuals would compete for votes.", "luganda": "Wano bibiina bya byabufuzi si bantu ebiyinza okuvuganya mu bululu." }, { "english": "Parliamentary seats would be allocated.", "luganda": "Ebifo by'obubaka bwa Paalamenti biyinza okuteekebwawo." }, { "english": "This system would reduce the incentive of individual politicians.", "luganda": "Enkola ekendeeza ku bintu ebifunibwa munnabyabufuzi ng'omuntu." }, { "english": "It would shift power from voters at the grassroots.", "luganda": "Kyandikyusizza obuyinza okuviira ddala ku balonzi abasookebwako." }, { "english": "The jockeying for top slots on the list of parliamentarians would centralize corruption.", "luganda": "Okulwanira ebifo bya waggulu ku lukalala lw'ababaka ba Paalamenti kyanditongoza enguzi." }, { "english": "This would shift money from a multitude of voters.", "luganda": "Kino kyandiggye ssente ku balonzi abawerera ddala." }, { "english": "Winnie would you accept to be our candidate for President?", "luganda": "Winnie oyinza okukkiriza okubeera eyeesimbyewo owaffe ku bwa pulezidenti?" }, { "english": "His wife Winnie Byanyima was surprised.", "luganda": "Mukyala we Winnie Byanyima yeewuunya nnyo." }, { "english": "And the conversation soon became even more serious", "luganda": "Era okunyumya kwafuuka kw'amaanyi nnyo." }, { "english": "Winnie said: \"It would be suicidal\".", "luganda": "Winnie yagamba nti kwandibadde kwetta." }, { "english": "How would you take him on?", "luganda": "Wandimukwasaganyizza otya?" }, { "english": "I guess they are.", "luganda": "Nteebereza be bo." }, { "english": "Days later on October twentieth two thousand Besigye dropped another surprise on Winnie", "luganda": "Ennaku ezaddirira nga abiri Ogwekkumi nkumi bbiri Besigye yaddamu okwewuunyisa Winnie." }, { "english": "I am going to run for president,\" he told her that night", "luganda": "Yamugamba ekiro ekyo nti ngenda kwesimbawo ku bwa pulezidenti." }, { "english": "Again she answered with a weighty caution", "luganda": "Era yamwanukula ng'abuusabuusa." }, { "english": "I will support you.", "luganda": "Nja kukuwagira." }, { "english": "We are defying Museveni.", "luganda": "Tuguguba nga tuwakanya Museveni." }, { "english": "He is going to fight us to the end.", "luganda": "Agenda kutulwanyisa okutuusa ku nkomerero." }, { "english": "This drama is captured in Daniel Kalinaki's book on Besigye.", "luganda": "Omuzannyo gwawandiikibwako ku Besigye mu katabo ka Daniel Kalinaki." }, { "english": "On October twenty-eighth two thousand at a little known restaurant in Kampala.", "luganda": "Nga abiri mu munaana Ogwekkumi nkumi bbiri ku ka tonninnyira akatamanyiddwa nnyo mu Kampala." }, { "english": "Nineteen years later Winnie appears to have been prophetic on both counts.", "luganda": "Emyaka kkumi na mwenda oluvannyuma Winnie alabise okuba nga yateebereza ku bintu byombi." }, { "english": "Secondly, Museveni and Besigye appear determined to \"fight to the end\"", "luganda": "Ekyokubiri Museveni ne Besigye balabika okuba abamalirivu okulwana okutuuka ku nkomerero." }, { "english": "Kalinaki published his book in two thousand fourteen.", "luganda": "Kalinaki yafulumya ekitabo kye mu nkumi bbiri mu kkumi n'ena." }, { "english": "The two thousand twenty-one presidential election nears.", "luganda": "Akalulu k'obwa Pulezidenti aka nkumi bbiri mu abiri mu gumu kasembedde." }, { "english": "And what will be the result?", "luganda": "Era ki ekinaavaamu?" }, { "english": "The document stirred divisions in the National Resistance Movement.", "luganda": "Ekiwandiiko kyaleeta enjawukana mu National Resistance Movement." }, { "english": "Dr. Besigye criticized the creeping autocracy under President Yoweri Museveni.", "luganda": "Dr Besigye yavumiridde obuyinza bwa Pulezidenti Yoweri Museveni obusukkiridde." }, { "english": "Besigye started off writing that I have taken a keen interest and participated in politics.", "luganda": "Besigye yatandise okuwandiika nti mmaze akabanga nga neetegereza era neetabye mu byobufuzi." }, { "english": "This was during a period of intense jostling to topple.", "luganda": "Kino kyakolebwa mu kaseera k'okusindiikirizibwa ennyo." }, { "english": "I am therefore fully aware of the excitement which Uganda received.", "luganda": "N'olw'ensonga eyo manyi bulungi okusanyuka Uganda kwe yafuna." }, { "english": "Besigye accused the National Resistance Movement of sectarianism.", "luganda": "Besigye yavunaanye National Resistance Movement okusosola mu mawanga." }, { "english": "It culminated in his declaration to stand for the presidency.", "luganda": "Kino kyaviiriddeko okulangirira kwe okwesimbawo ku bwa pulezidenti." }, { "english": "Since the two thousand one election Besigye has stood three more times against Museveni.", "luganda": "Okuva ku kalulu ka nkumi bbiri mu gumu Besigye yeesimbye ku Museveni emirundi emirala esatu." }, { "english": "He has incurred the wrath of the National Resistance Movement regime with trials teargas.", "luganda": "Alozezza ku bukambwe bw'obukulembeze bwa National Resistance Movement n'okugezesebwa ttiyagaasi." }, { "english": "But two thousand nineteen marks thirty years since Besigye became disillusioned with Museveni.", "luganda": "Mu nkumi bbiri mu kkumi na mwenda giwera emyaka asatu okuva Besigye lwe yafuna obutakkaanya ne Museveni." }, { "english": "The trigger appears to have been a decision in October.", "luganda": "Emmanduso erabika okuva ku kyasalibwawo mu Gwekkumi." }, { "english": "The National Resistance Council had expanded its membership with two hundred twenty county representatives.", "luganda": "National Resistance Council egaziyizza obwammemba bwayo n'abakiise ku magombolola bibiri mu abiri." }, { "english": "Some people did not support the Besigye campaigning during the two thousand sixteen elections.", "luganda": "Abantu abamu tebaawagira Besigye kuvuganya mu kalulu ka nkumi bbiri mu kkumi na mukaaga." }, { "english": "Waswa Ziritwawula a representative from the Democratic Party resigned from the National Resistance Council.", "luganda": "Waswa Ziritwawula omukiise okuva mu Democratic Party yalekulidde okuva ku National Resistance Council." }, { "english": "Some people demanded a referendum on the issue.", "luganda": "Abantu abamu baasabye akalulu ak'ekikungo ku nsonga." }, { "english": "However bush war acolytes defied them sometimes with threats.", "luganda": "Wabula abagoberezi ba bannansiko babagaana n'okutiisibwatiisibwa ebiseera ebimu." }, { "english": "Gertrude Njuba assured that the National Resistance Council was there.", "luganda": "Gatrude Njuba yakakasa nti National Resistance Council yali w'eri." }, { "english": "Kalinaki wrote that the National Resistance Council was set up to formalize the decisions.", "luganda": "Kalinaki yawandiika nti National Resistance Council yatandikibwawo okuteekesa mu nkola ebyasalibwawo." }, { "english": "I could not see how we could make a transition with Museveni.", "luganda": "Nali siyinza kulaba bwe twandikoze nkyukakyuka ne Museveni." }, { "english": "At a personal level that confidence had completely collapsed.", "luganda": "Ku ddaala ly'obuntu obuvumu obwo bwali buggwereddewo ddala." }, { "english": "By that time I was convinced that there was corruption.", "luganda": "Mu kiseera ekyo nnali mukakafu nti waaliwo enguzi." }, { "english": "It only got worse.", "luganda": "Yasajjuka busajjusi." }, { "english": "But from that time I knew we were in for a difficult time.", "luganda": "Naye okuva mu kaseera ako namanya nti twali twolekedde akaseera akazibu." }, { "english": "However we could not even persuade anybody that there was a huge problem.", "luganda": "Wabula twali tetuyinza kumatiza muntu yenna nti waaliwo ekizibu ekinene." }, { "english": "Many people had not awoken to the disaster that we were sitting with.", "luganda": "Abantu bangi baali tebannamanya kizibu kye baali batudde nakyo." }, { "english": "My mind was made up much earlier than we were heading for trouble.", "luganda": "Obwongo bwange bwali bwakenga mangu nti twali twolekedde obuzibu." }, { "english": "Besigye initially sought to correct what he saw as going wrong.", "luganda": "Besigye okusooka yalowooza okutereeza bye yalaba nga bisobye." }, { "english": "On prompting Museveni's brother Salim Saleh he wrote a dossier.", "luganda": "Amangu ddala muganda wa Museveni Salim Saleh yawandiika omukuku gw'ekiwandiiko." }, { "english": "In it he pointed issues that were in his view not being handled properly.", "luganda": "Yasonga ku nsonga mu ndaba ye ze yalaba nga tezikwatiddwa bulungi." }, { "english": "The issue of recruitment to and promotion within the army was contentious at the time.", "luganda": "Ensonga y'okuyingiza n'okukuzibwa mu magye yaliko akabuuza mu kiseera ekyo." }, { "english": "Whether the money is stolen from the state or acquired honestly is irrelevant.", "luganda": "Oba ssente zibbiddwa mu ggwanga oba zifuniddwa mu mazima si nsonga." }, { "english": "Voters don't distinguish between the private resources of a politician and the public finances.", "luganda": "Abalonzi tebaawula wakati w'ebintu bya munnabyabufuzi ssekinnoomu n'ensimbi za gavumenti." }, { "english": "People are even more willing to support that.", "luganda": "Abantu beetegefu na nnyo okuwagira ekyo" }, { "english": "People think the corrupt steal for them.", "luganda": "Abantu balowooza nti omuli w'enguzi abba mu bo." }, { "english": "These charges range from murder to rape and extortion.", "luganda": "Emisango gino giva ku butemu okukabasanya n'okukozesa eryanyi okufuna ensimbi." }, { "english": "Candidates with criminal records in India are three times more likely to win elections.", "luganda": "Abeesimbyewo abalina emisango mu Buyindi balabise okuwangula okulonda emirundi egisukka mu esatu." }, { "english": "The honest politicians quit electoral competition or are trounced when they have tried.", "luganda": "Bannabyabufuzi ab'amazima bava mu kalulu ak'okuvuganya oba bawangulirwa ddala nga bagezezzaako." }, { "english": "The private sector is rich enough to fund individuals who represent its interests.", "luganda": "Abeekozesa bagagga ekimala okuvujjirira omuntu atuusa ebiteeso byabwe." }, { "english": "He stepped down from his revolutionary utopia to the hard rock of reality.", "luganda": "Yava mu nkyukakyuka ey'amazima eyali eruubirirwa mu kaseera akatakkirizika." }, { "english": "The model is to limit the role of money in politics.", "luganda": "Enkola ya kukendeeza ku mulimu gwa ssente mu byobufuzi." }, { "english": "It is like asking them to bite the hand that feeds their political success", "luganda": "Kiringa kubagamba okuluma omukono ogusinziirako obuwanguzi bwabwe mu byobufuzi." }, { "english": "The corrupt political-machine system has over decades improved albeit slowly.", "luganda": "Enkola y'okulwanyisa enguzi mu byobufuzi ekoze okumala emyaka newankubadde esooba." }, { "english": "A lot of political corruption has been legalized like lobbying.", "luganda": "Enguzi nnyingi mu byobufuzi mu butuufu etongozeddwa ng'akatundu k'etteeka akatakwata bakulu." }, { "english": "Votes were sold in an open marketplace the way we buy tomatoes and beans.", "luganda": "Obululu bwatundibwa mu lujjudde mu katale nga bwe tugula ennyaanya n'ebijanjaalo." }, { "english": "We give up on democracy.", "luganda": "Twava ku nkola egoberera amateeka." }, { "english": "The three forms of government include aristocracy theocracy and democracy.", "luganda": "Enkola za gavumenti essatu mulimu abantu abawaggulu ennyo enfuga eyeesigamiziddwa ku nzikiriza n'eyamateeka." }, { "english": "The parliamentary seats are allocated according to the share of votes a party got.", "luganda": "Ebifo bya Paalamenti bigabibwa okusinziira ku muwendo gw'obululu ekibiina bwe kyafuna." }, { "english": "Individual politicians ingratiate themselves with voters by giving them money.", "luganda": "Bannabyabufuzi ssekinnoomu baagalibwa abalonzi olw'okubawa ssente." }, { "english": "Power from voters is shifted at the grassroots to political party bosses.", "luganda": "Amaanyi g'abalonzi gaakyusibwa okuva wansi okudda ku bakulira ebibiina by'ebyobufuzi." }, { "english": "Aspiring legislators would now bribe party bosses.", "luganda": "Bannamateeka abeesimbyewo kati basobola okugulirira abakulira ebibiina." }, { "english": "Money is shifted to a small group of party bigwigs.", "luganda": "Ssente zitwalibwa akabinja akatono ak'abanene mu kibiina." }, { "english": "Kizza Besigye posed that question sometime in early October two thousand.", "luganda": "Kizza Besigye yabuuzaako ekibuuzo ekyo emabegako mu nkumi bbiri Ogwekkumi" }, { "english": "I wouldn't do that!", "luganda": "Sandikoze ekyo." }, { "english": "Winnie countered that it takes some time to turn discontent into votes", "luganda": "Winnie yakizuula nti ebiseera ebimu okyusa obutali bumativu mu bululu." }, { "english": "I hope you realize that this is a one-way ticket.", "luganda": "Nsuubira wetegerezza nti eno tiketi ya lutambula lumu." }, { "english": "The book is titled \"Kizza Besigye: Uganda's Unfinished Revolution\"", "luganda": "Ekitabo kirina omutwe nti \"Kizza Besigye: Uganda's Unfinished Revolution\"" }, { "english": "Besigye publicly declared his intention to challenge Museveni in a press statement.", "luganda": "Besigye yalangirira mu lujjudde ekiruubirirwa kye okuvuganya Museveni mu kiwandiiko kye yawaako bannamawulire." }, { "english": "He has challenged Museveni in four presidential elections over sixteen years.", "luganda": "Yaakavuganya Museveni mu kulonda kw'obwa Pulezidenti kwa mirundi ena okumala emyaka kkumi na mukaaga." }, { "english": "The two thousand sixteen presidential battle between Museveni and Besigye already looming.", "luganda": "Olutalo lw'obwa Pulezidenti olwa nkumi bbiri mu kkumi na mukaaga wakati wa Museveni ne Besigye luyindayinda." }, { "english": "Most Ugandans are asking whether Besigye will again challenge Museveni for the fifth time.", "luganda": "Bannayuganda abasinga babuuza oba Besigye ajja kuvuganya Museveni omulundi ogwokutaano." }, { "english": "This is the time when Besigye will finally succeed.", "luganda": "Oluvannyuma kino ky'ekiseera Besigye wajja okuwangulira." }, { "english": "It was then known as the Movement.", "luganda": "Mu kiseera ekyo gwamanyibwa ng'omugendo." }, { "english": "Museveni was then in his thirteenth year in power having taken over Uganda.", "luganda": "Museveni ebiseera ebyo yali mu mwaka gwe Ogwekkumi n'esatu mu buyinza okuva lwe yatandika okukulembera Uganda." }, { "english": "I have participated in political activities on the Ugandan scene.", "luganda": "Neetabye mu byobufuzi mu Uganda." }, { "english": "It later succeeds the Idi Amin regime.", "luganda": "Oluvannyuma kyaddirira omulembe gwa Idi Amin." }, { "english": "The dossier resulted in the court martialing of Besigye.", "luganda": "Omugugu gw'ekiwandiiko gwaviirako Besigye okusimbibwa mu kkooti y'amagye." }, { "english": "Besigye accused the National Resistance Movement of being a one-man dictatorship.", "luganda": "Besigye yalumiriza National Resistance Movement okuba wansi wa nnakyemalira omu." }, { "english": "It culminated in his declaration in the two thousand one elections.", "luganda": "Kyaviirako okulangirira kwe mu kulonda kwa nkumi bbiri mu gumu." }, { "english": "He also incurred constant arrests torture and blockades on his home.", "luganda": "Era yakwatibwanga okutulugunyizibwa n'okuggalirwa mu maka ge." }, { "english": "The decision was made in October one thousand nine hundred eighty-nine.", "luganda": "Okusalawo kwakolebwa mu Gwekkumi lukumi mu lwenda kinaana mu mwenda." }, { "english": "They had not appointed the National Resistance Movement or its organs in the first place.", "luganda": "Baali tebannalonda National Resistance Movement oba ebiwayi byayo okusooka." }, { "english": "The National Resistance Council was set to formalize National Resistance Movement decisions.", "luganda": "National Resistance Council yatandikibwawo okuteekesa mu nkola ebyasalibwawo National Resistance Movement." }, { "english": "There was no respect for the rules and plans we were making", "luganda": "Tewaaliwo kussa kitiibwa mu mateeka n'enteekateeka ze twali tukola." }, { "english": "Corruption scandals rocked the country.", "luganda": "Obuli bw'enguzi bwajjula eggwanga." }, { "english": "Besigye sought to correct what was wrong within National Resistance Movement.", "luganda": "Besigye yalowooza okutereeza ebyali bisobye mu National Resistance Movement." }, { "english": "The dossier was addressed to top army officers.", "luganda": "Omukuku gw'ekiwandiiko gwaweebwako abakungu b'amagye ab'oku ntikko." }, { "english": "Issues not held properly include recruitment training deployment legal and regulatory deficiencies.", "luganda": "Ensonga ezaali tezikolebwako bulungi mwalimu okuyingiza okutendeka okuyiwa enteekesa y'amateeka mu nkola embi." }, { "english": "Muhoozi Kainerugaba Museveni's son joined the military.", "luganda": "Muhoozi Kainerugaba mutabani wa Museveni yayingira amagye." }, { "english": "They see such accusations as attempts to sideline them.", "luganda": "Balaba ebiteeberezebwa ebyo ng'oluwenda lw'okubasosola." }, { "english": "We cannot eliminate it.", "luganda": "Tetusobola kuggyawo kino." }, { "english": "It was perfectly legal.", "luganda": "Kyali bulungi mu mateeka." }, { "english": "How can you in this short time take on Museveni?", "luganda": "Oyinza otya mu kaseera kano akatono okwanganga Museveni?" }, { "english": "Besigye appears to have failed to \"turn discontent into votes\".", "luganda": "Besigye alabise okuba nga alemereddwa okukyusa obutali bumativu mu bululu." }, { "english": "This November marked twenty years since Besigye penned his famous dossier.", "luganda": "Ogwekkumi na gumu guno giwera emyaka abiri okuva Besigye lwe yawandiika omukuku gw'ekiwandiiko ekimanyiddwa." }, { "english": "Uganda was in the throes of a one-party political system.", "luganda": "Uganda yali mu katuubagiro k'enkola y'ebyobufuzi ey'ekibiina ekimu." }, { "english": "Museveni took over Uganda in one thousand nine hundred eighty-six.", "luganda": "Museveni yagenda ku bukulembeze bwa Uganda mu lukumi mu lwenda kinaana mu mukaaga." }, { "english": "Besigye participated in political activities since the late seventies.", "luganda": "Besigye yeetaba mu byobufuzi okuviira ddala mu myaka gy'ensanvu nga giggwako." }, { "english": "They toppled over and later succeed the Idi Amin regime.", "luganda": "Baalwana oluvannyuma ne baggyako obufuzi bwa Idi Amin." }, { "english": "At that time Besigye was a Colonel in the Uganda People Defense Force.", "luganda": "Mu kiseera kino Besigye yali Kkano mu Uganda People Defense Force." }, { "english": "The decision was made by the National Resistance Council.", "luganda": "Okusalawo kwakolebwa National Resistance Council." }, { "english": "If they did not comply more pliant people would be found.", "luganda": "Singa tebakkiriza abantu abalala abasendebwasendebwa bandisangiddwa." }, { "english": "The capriciousness of Museveni's rule.", "luganda": "Obutakwatagana bw'obufuzi bwa Museveni." }, { "english": "Muhoozi joined the military with many of his close friends and associates.", "luganda": "Muhoozi yayingira amagye ne mikwano gye mingi era bwe baali ku ddala lye limu." }, { "english": "Besigye said people are fed up with him.", "luganda": "Besigye yagamba nti abantu bamwetamiddwa." }, { "english": "An insider's view on how National Resistance Movement lost the broad base'", "luganda": "Endaba ey'omunda ku butya National Resistance Movement gye yawanguddwamu munda." }, { "english": "Besigye aired his views in the wrong forum.", "luganda": "Besigye yayisizza endowooza ze ku mukutu omukyamu." }, { "english": "The council was the parliament of that time.", "luganda": "Akakiiko ke kaali paalamenti y'ekiseera ekyo." }, { "english": "Intolerance had developed.", "luganda": "Obutakkaanya bwali bubaluseewo." }, { "english": "They joined the military in alleged unclear circumstances.", "luganda": "Baayingira amagye mu ngeri ezigambibwa ezitaali nnambulukufu." }, { "english": "Sam Rwakoojo's contract had expired.", "luganda": "Endagaano ya Sam Rwakoojo yali eweddeko." }, { "english": "Murchison falls is located in the North-Western part of the country.", "luganda": "Ebiyiriro bya Murchison bisangibwa mu bukiikakkono bw'obugwanjuba bw'eggwanga." }, { "english": "Conservationists explain that the construction will destroy the ecosystem and the country's tourism prospects.", "luganda": "Abateesa bannyonnyola nti okuzimba kujja kusaanyaawo obutonde era kutataaganye n'ebyobulambuzi mu ggwanga." }, { "english": "He addressed a stakeholders meeting convened by Uganda Wildlife Authority.", "luganda": "Yayogera eri abo be kikwatako mu lukiiko olwatuuzibwa ekitongole kya Uganda ekikuuma ebisolo byomunsiko." }, { "english": "The ministry will put science into considerations when they embrace the project.", "luganda": "Ebitongole bya gavumenti bijja kukozesa ssayansi nga biteeka mu nkola emirimu." }, { "english": "The small capsules contain mysterious blood powder that imitates human blood.", "luganda": "Mu bukerenda bwa kapiso mulimu obuwunga bw'omusaayi ogwefaanyirizaako ogw'abantu." }, { "english": "The bride arrives in the coffin for the wedding.", "luganda": "Omugole omukazi yajjira mu kkeesi y'abafu ku mbaga." }, { "english": "The roof is covered with solar panels that help it have sufficient electricity.", "luganda": "Akasolya kaliko ebisowaani ebikwata amaanyi g'enjuba ebikayamba okufuna amasannyalaze agakamala." }, { "english": "The international motoring journalists embrace the latest generation.", "luganda": "Munnamawulire w'ensi yonna ow'emmotoka z'empaka ayaniriza omulembe oguliko." }, { "english": "Others include Range rover Renault Clio Tesla model three Toyota corolla Volkswagen", "luganda": "Endala mulimu: Range rover Renault Clio Tesla model three Toyota corolla Volkswagen ne Volvo." }, { "english": "Mazda Three was the women's car of the year two thousand and nineteen.", "luganda": "Mazda Three ye yali emmotoka y'abakazi mu mwaka gwa nkumi bbiri mu kkumi na mwenda." }, { "english": "This center for development is at the University of Bern.", "luganda": "Entabiro y'enkulaakulana eri ku Ssettendekero wa Bern." }, { "english": "Edith Nakalema is unempowered in fulfilling her obligations towards corrupt generals.", "luganda": "Edith Nakalema talina maanyi na busobozi okukola omulimu gwe ku bakulu mu magye abali b'enguzi." }, { "english": "The church receives donations that are unaccounted for.", "luganda": "Ekkanisa efuna obugabirizi naye tebumanyikiddwako kye bukola oba gye bulaga." }, { "english": "She was responding to the parliamentary questions.", "luganda": "Yali addamu ebibuuzo bya palaamenti." }, { "english": "This was at Kingdom Kampala on December second.", "luganda": "Kino kyaliwo nga ennaku z'omwezi bbiri Ogwekkumi n'ebiri ku Kingdom Kampala." }, { "english": "The electoral commission gave little time towards updating the voter's register.", "luganda": "Akakiiko k'ebyokulonda kaateekawo ekiseera kitono okuzza olukalala lw'abalonzi obuggya." }, { "english": "He explained that the government drafted a paper to carry out the feasibility study.", "luganda": "Yannyonnyola nti gavumenti efulumizza enkola enaagobererwa nga bagezesa." }, { "english": "Malac was critical of corruption in President Museveni's government in her stay in Uganda.", "luganda": "Malac yavumiriranga nnyo enguzi mu gavumenti ya Museveni bwe yali ali mu Uganda." }, { "english": "Museveni sent the controversial Genetically Modified Organisms Bill back to Parliament twice.", "luganda": "Museveni yazzaayo ebbago erikwata ku mmere oba ebintu ebikolerere mu paalamenti emirundi ebiri." }, { "english": "The United States government strongly backs the passing of the Genetically Modified Organisms Bill.", "luganda": "Gavumenti ya America ewagira nnyo okuyisa etteeka ku mmere oba ku bintu ebikolerere." }, { "english": "Malac has low-cut blonde hair and colorful outfits.", "luganda": "Malac alina obuviiri bumpi ayambala nnyo n'engoye eza langi." }, { "english": "Reports say she is headed to Rome Italy as her next posting", "luganda": "Amawulire galaga nti baamusindise kukolera Rome mu Italy." }, { "english": "Electoral Commission faces suit over registration deadline.", "luganda": "Akakiiko k'ebyokulonda kaatwalibwa mu kkooti ku nsonga za nsalassale ow'okuwandiisa abalonzi." }, { "english": "I want to see what the police officers are doing.", "luganda": "Njagala kulaba abasirikale bye bakola." }, { "english": "I don't want to monitor only the criminals but also my group.", "luganda": "Ssaagala kulondoola bazzi ba misango bokka naye n'abantu bange bennyini." }, { "english": "The cameras should be installed at the police station counters.", "luganda": "Mukettabikolwa ziteekebwe ewatuukirwa abagenyi." }, { "english": "Police constructed a three-storeyed structure and also installed monitoring gadgets.", "luganda": "Poliisi yazimba ekizimbe kya myaliriro esatu n'eteekako n'ebyuma bikalimagezi ebirondoola." }, { "english": "The commission was the end of the first phase of the installation of cameras.", "luganda": "Okutongoza ye yali enkomerero y'ettundutundu erisooka ey'okuteeka mukettabikolwa ku nguudo." }, { "english": "Museveni's pushed for the closed-circuit television cameras.", "luganda": "Museveni ye yaleeta ekirowoozo eky'okugula zimukettabikolwa enkessi." }, { "english": "The closed-circuit television cameras center is for monitoring police too.", "luganda": "Zimukettabikolwa enkessi zaali za kulondoola n'Abapoliisi." }, { "english": "Museveni was joined by other government officials like Chief Justice Bart Katureebe Rebecca Kadaga.", "luganda": "Museveni yeegattibwako ebikonge bya gavumenti ebirala nga Ssaabalamuzi Bart Katureebe ne Rebecca Kdaga." }, { "english": "The walk is being held in commemoration of the anti-corruption week in early December", "luganda": "Okutambula kukolebwa okujjukira ssabbiiti y'obuli bw'enguzi mu ntandikwa y'Okgwekkumi n'ebiri." }, { "english": "The anti-corruption walk is also meant to mark one year.", "luganda": "Olutambula ku buli bw'enguzi era lugendereramu okukomekkereza omwaka." }, { "english": "Ugandans commenting on social media expressed dissatisfaction.", "luganda": "Engeri Bannayuganda gyebaanukulamu ku mikutu emigattabantu tematiza." }, { "english": "Ugandans scorned the piecemeal attempts at fighting corruption.", "luganda": "Bannayuganda tebaafaayo kimala ku kulwanisa obuli bw'enguzi." }, { "english": "John Muhanguzi Kashaka may spend more time in jail.", "luganda": "John Muhanguzi Kashaka akyayinza okweyongera okubeera mu nkomyo." }, { "english": "Kashaka's conviction and sentence were jointly upheld with that of Henry Bamutura.", "luganda": "Okusingibwa omusango kwa Kashaka n'okubonerezebwa byakkaatirizibwa n'ebya Henry Bamutura." }, { "english": "The Anti-corruption Court convicted the three in two thousand fourteen.", "luganda": "Kkooti erwanisa obukenuzi yasingisa abantu basatu emisango mu nkumi bbiri kkumi n'ena." }, { "english": "The said bicycles were to be used by parish and Local chairpersons.", "luganda": "Obugaali obwogerwako bwali bwa kukozesebwa abeemiruka ne ba Ssentebe b'ebyalo." }, { "english": "The bicycles have never been delivered", "luganda": "Obugaali tebutuusibwanga." }, { "english": "However the convicts challenged their respective sentences and conviction.", "luganda": "Mpozzi ate abaasingisibwa emisango beerwanako ku bibonerezo ebyabaweebwa." }, { "english": "They also argued that the lower court is incorrect in law and fact.", "luganda": "Mpozzi era baakayana nti kkooti ento si ye yali entuufu mu mazima ne mu mateeka." }, { "english": "My prosperity comes from others.", "luganda": "Enkulaakulana yange ngifuna kuva mu bantu balala." }, { "english": "If I say my tribe my tribe it doesn't make sense.", "luganda": "Bwe njogera eggwanga lyange eggwanga lyange tekikola makulu." }, { "english": "Museveni emphasized the need for a united Uganda in particular.", "luganda": "Museveni yakkaatiriza obwetaavu bwa Uganda ey'awamu okutwaliza awamu." }, { "english": "The President was speaking during a meeting with the visiting Ethiopian Public Diplomacy Team.", "luganda": "Omukulembeze w'eggwanga yayogera mu lukiiko olwalimu abakungu okuva mu Ethopia." }, { "english": "The sixty-man delegation was on a five-day visit to the country.", "luganda": "Ekibinja ky'abantu kyali ku bugenyi bwa nnaku ttaano mu ggwanga." }, { "english": "The court holds Kashaka's ten-year jail sentence.", "luganda": "Kkooti evunaanyizibwa ku kibonerezo kya Kashaka eky'emyaka ekkumi mu nkomyo." }, { "english": "Joshua Cheptegei is the current ten-kilometer world champion.", "luganda": "Joshua Cheptegei ye nnantameggwa w'embiro za kiromita ekkumi mu nsi yonna." }, { "english": "What a year it has been.", "luganda": "Ddala gubadde mwaka gwa njawulo!" }, { "english": "I can't believe what the twenty-three-year-old said after the race.", "luganda": "Siyinza kukikkiriza ow'emyaka 23 kye yayogedde oluvannyuma lw'empaka." }, { "english": "I knew that Valencia was going to be a really fast course.", "luganda": "Namanya nti Valencia gijja kuba misinde gya kafubutuko." }, { "english": "So to get to achieve what we came here for is something really special.", "luganda": "Nolwekyo okutuukiriza ekyo ekyatuleeta kintu kya njawulo nnyo." }, { "english": "Cheptegei is a leading contender for the ten thousand meters gold.", "luganda": "Cheptegei y'atunuuliddwa ng'agenda okwetikka omudaali gwa zzaabu ku misinde egya kiromita mutwalo." }, { "english": "Cheptegei caps two thousand nineteen with a new ten-kilometer record.", "luganda": "Cheptegei yeetikka nkumi bbiri kkumi na mwenda olw'okuteekawo ebyafaayo ebipya mu misinde gya kiromita kkumi." }, { "english": "Nine people have so far been arrested.", "luganda": "Abantu mwenda be baakakwatibwa." }, { "english": "The suspects include six Uganda People's Defense Force soldiers and three civilians.", "luganda": "Abateeberezebwa omukaaga basirikale ba ggye lya ggwanga abasatu bantu baabulijjo." }, { "english": "Cherukut was undergoing a course at the College of Logistics and Engineering in Magamaga", "luganda": "Cherukut yali asoma essomo lya Logistics ne Engineering e Magamaga." }, { "english": "Nine held over the murder of Uganda People's Defense Force soldier in Jinja.", "luganda": "Abantu mwenda be baakwatibwa ku kuttibwa kw'omusirikale w'eggye lya Uganda mu Jinja." }, { "english": "There is continued heavy gunfire in the Democratic Republic of Congo town of Beni.", "luganda": "Waliwo okubwatuka kw'amasasi okugenda mu maaso mu kibuga kya Democratic Republic of Congo eky'e Beni." }, { "english": "Security forces stopped hundreds of demonstrators attempting to get close to United Nations headquarters.", "luganda": "Ab'ebyokwerinda baatangidde ebikumi by'abeegugunzi okutuuka ku kitebe ky'amawanga amagatte." }, { "english": "There has been an explosion of anger over the perceived failure of United Nations peacekeepers.", "luganda": "Wabaddewo akaccankalano n'obusungu mu bantu olwa bye balowooza nti abakuumaddembe ab'ekitongole ky'amawanga amagatte balemereddwa" }, { "english": "Over twenty people were killed by attackers.", "luganda": "Abantu abasukka mu makumi abiri battibwa abalumbaganyi." }, { "english": "Many of the victims were hacked to death or beheaded.", "luganda": "Abangi ku abo baakubwa kutuusa kubatta oba kubatemako mitwe." }, { "english": "A few Beni residents were killed last month.", "luganda": "Abatuuze b'e Beni abatonotono battibwa omwezi oguwedde." }, { "english": "More anti-United Nations protests in the Democratic Republic of Congo.", "luganda": "Obwegugungo obuwakanya amawanga amagatte bweyongera mu Democratic Republic of Congo." }, { "english": "He launched the two thousand nineteen Forum On China African Cooperation.", "luganda": "Yayanjula enteekateeka ya China ey'enkumi bbiri kkumi na mwenda eri ku nkolagana ya China ne Afirika" }, { "english": "Museveni addressed the conference at Speke Resort Munyonyo.", "luganda": "Museveni yayogeddeko eri abakungaanye ku Speke Resort e Munyonyo." }, { "english": "He pointed out that for Uganda and Africa to get out of poverty.", "luganda": "Yanokoddeyo engeri Uganda ne Afirika gye bajja okuva mu bwavu." }, { "english": "The way to abolish poverty is through each family in Uganda and Africa.", "luganda": "Engeri y'okumalawo obwavu kwe kuyita mu boluganda kinnoomu mu Uganda ne Afirika." }, { "english": "Museveni stresses Information Communication Technology at the China Africa conference.", "luganda": "Museveni akkaatiriza tekinologiya w'ebyempuliziganya ku lukungaana lwa China ne Afirika." }, { "english": "I think that whoever is advising the government on this has got it wrong.", "luganda": "Ndowooza oyo yenna awa gavumenti amagezi ku kino akifunye mu bukyamu." }, { "english": "Murchison falls should be left untouched.", "luganda": "Ebiyiriro bya Murchison birina okulekebwa nga tebikwatiddwako." }, { "english": "It is one of the only remaining natural tourists attractions.", "luganda": "Kye kimu ku byobutonde ebisikiriza abalambuzi ebikyasigaddewo." }, { "english": "I think the government needs to weigh the options very critically.", "luganda": "Ndowooza nti gavumenti yeetaaga okwekenneenya amakubo n'obwegendereza okutuuka ebuziba" }, { "english": "Tourism is increasingly becoming a major foreign exchange earner with minimal government investment", "luganda": "Ebyobulambuzi bigenze byeyongera okuyingiza ensimbi engwira wano wadde nga gavumenti yaffe eteekamu ssente ntono." }, { "english": "Tourism is becoming a major foreign exchange earner with minimal government investment.", "luganda": "Ebyobulambuzi bifuuka ebiyingiza ensimbi ennyingi wano wadde nga gavumenti yaffe eteekamu ssente ntono." }, { "english": "We should not solely rely on some foreigners.", "luganda": "Tetulina kwesigama ku mugwira omu." }, { "english": "We should as a country be moving away from very expensive projects.", "luganda": "Tusaanye nga eggwanga tuve ku bintu ebitwala ensimbi ennyingi." }, { "english": "I have been making a critical look at what is called Rural Electrification", "luganda": "Mbadde nkola okwekkaanya ku kiyitibwa okusembeza amasannyalaze mu byalo." }, { "english": "An air-conditioned office is good in Kampala.", "luganda": "Woofiisi eyisa obulungi empewo nnungi mu Kampala" }, { "english": "The rural people only stop at paying for the connection.", "luganda": "Abantu b'omu byalo bakoma kusasulira kuyungibwa." }, { "english": "Maybe the trading centers where the power is used for commercial purposes.", "luganda": "Mpozzi mu bubuga abantu gye bakozesa amasannyalaze mu byobusuubuzi." }, { "english": "According to the Uganda Police Annual two thousand nineteen Crime Report.", "luganda": "Okusinziira ku alipoota oba ebyakungaanyizibwa poliisi ebya buli mwaka mu mwaka gw'enkumi bbiri kkumi na mwenda." }, { "english": "Theft is rampant in Kampala city and peri-urban areas.", "luganda": "Obubbi bungi nnyo mu Kampala n'ebibuga ebitonotono." }, { "english": "According to the same report cases of break-ins theft and robbery continued to increase.", "luganda": "Okusinziira ku alipoota y'emu omusango gw'okumenya obubbi n'obunyazi gugenze nga gweyongera." }, { "english": "The killings of mobile money agents and other victims about money.", "luganda": "Okuttibwa kwabo abakola ogw'okuweereza ssente nga baziyisa ku masimu n'abo abeekuusa ku ssente." }, { "english": "The efforts of the government to combat crime in many ways.", "luganda": "Amaanyi ga gavumenti okulwanisa obuzzi bw'emisango mu ngeri ez'enjawulo." }, { "english": "This therefore begs one to ask.", "luganda": "Kino nolwekyo kisaba omuntu okubuuza." }, { "english": "Traditional Banking services are still considered the safest way to keep money today.", "luganda": "Enkola y'edda ey'okutereka ssente ekyali y'amaanyi era eyeesigika." }, { "english": "From traveler's checks to bank slips to depositing via the automated teller machine.", "luganda": "Okuva okukebera abatambuze bank slip okutuuka okutereka ssente nga bakozesa ekyuma ekifulumya ssente." }, { "english": "Early this year just ahead of the African Cup of Nations semifinals in Egypt.", "luganda": "Omwaka guno nga gutandika nga twolekera empaka z'akamalirizo ez'omupiira gwa ssemazinga w'Afirika mu Egypt." }, { "english": "I had a chance to watch a live game with my nine-month son for free.", "luganda": "Nalina omukisa okulaba omuzannyo ne mutabani wange ow'emyezi omwenda." }, { "english": "As I listened to the radio this morning", "luganda": "Nga bwe nnawulirizza omuleereetu amakya gano." }, { "english": "I think as customers we should be the ones to pay these companies.", "luganda": "Ndowooza ng'abaguzi twandibadde ffe abasasula kkampuni ezo." }, { "english": "I urge you to embrace the use of Digital services across different platforms.", "luganda": "Mbakubiriza okwettanira enkozesa y'ebyuma okwetooloola wonna." }, { "english": "Early this year just ahead of the African Cup of Nations semifinals in Egypt.", "luganda": "Andrew Kasujja omukugu mu by'ensimbi ezitali za mpeke mu Strategic Impact advisors." }, { "english": "Why should poor countries of the East African Community go into an arms race?", "luganda": "Naye ddala lwaki ensi za ssemazinga wa Afirika zi nakunkunyedda zettanira nnyo okuvuganya mu byokulwanisa?" }, { "english": "In two thousand eleven President Museveni raided the treasury and bought six jet fighters.", "luganda": "Mu nkumi bbiri kkumi na gumu Omukulembeze yakwata mu ggwanika n'agula ennyonyi ennwanyi mukaaga." }, { "english": "The jets are parked to rust away in the tropical heat and rain.", "luganda": "Ennyonyi zaasimbibwa awo kutalagga mu bbugumu eringi ennyo eriyitiridde n'enkuba." }, { "english": "Only once in a while but still piloted by Russian experts.", "luganda": "Mulundi gumu gwokka mu bbanga eddene naye era zikyavugibwa abakugu Abarussia." }, { "english": "If the seven hundred forty dollars were put to productive use.", "luganda": "Singa ddoola lusanvu mu ana zaateekebwa mu kintu ekizza amagoba." }, { "english": "Who's buying the biggest guns in East Africa.", "luganda": "Ani agula emmundu ezisingayo obunene mu buvanjuba bwa Afica." }, { "english": "Well thought out comment", "luganda": "Endowooza eyo erowoozeddwako bulungi." }, { "english": "Actually I keep wondering why we have very few state partnerships.", "luganda": "Mu butuufu nkyewuunya ddala lwaki tukyalina ensi zi namikago ntono nnyo." }, { "english": "If indeed we were strategic we would be having partnerships in many areas.", "luganda": "Singa ddala twali tubala twalibadde tulina bannamikago mu ngeri nnyingi." }, { "english": "Murchison falls should be left untouched.", "luganda": "Ebiyiriro bya Murchison birina okulekebwa nga tebikwatiddwako." }, { "english": "Besigye's political honesty.", "luganda": "Obwerufu bwa Besigye mu byobufuzi." }, { "english": "In attendance was Doctor Kizza Besigye the leading pillar of the opposition in Uganda.", "luganda": "Mu baaliwo mwalimu ne Dr. Besigye empagi luwaga ku ludda oluvuganya gavumenti." }, { "english": "Besigye said Uganda Patriotic Movement lost in the one thousand nine hundred eighty elections.", "luganda": "Besigye yagamba nti Uganda Patriotic Movement yawangulwa mu bululu bwa lukumi mu lwenda mu kinaana." }, { "english": "Besigye said Rukikaire got the highest number of votes.", "luganda": "Besigye yagmbye nti Rukikaire yafuna omuwendo gw'obululu obusinga obungi." }, { "english": "There are expectations to this rule.", "luganda": "Waliwo ebisuubirwa mu lufuga luno." }, { "english": "However overall political competition requires money everywhere even in the richest countries.", "luganda": "Wabula empaka z'ebyobufuzi zonna zeetaaga ssente buli wamu ne munsi engagga." }, { "english": "In poor countries money gains greater significance because the electorate is ethnically diverse.", "luganda": "Mu nsi enjavu ssente zifuuka za mugaso olw'okubanga abalonzi ba mawanga ga njawulo." }, { "english": "For poor people small donations of sugar or meat and soap acquire disproportionate importance.", "luganda": "Ku bantu abaavu obulabolabo obutonotono nga sukaali ssabbuuni ennyama bibawa omugaso ogutenkanankana na kye bawaayo." }, { "english": "Agrarian societies have values and norms.", "luganda": "Abalimi balina emiramwa n'obulombolombo." }, { "english": "I made the same point as Besigye in this column last week.", "luganda": "Nanokolayo ensonga y'emu nga Besigye mu mawulire wiiki ewedde." }, { "english": "Malac always spoke out on other issues of press freedom and transparency in government.", "luganda": "Malac yayogeranga mu lwatu ku nsonga z'eddembe lya bannamawulire n'obwerufu mu gavumenti." }, { "english": "Ambassador Malac also supported the controversial Genetically Modified Organisms Bill.", "luganda": "Omubaka wa Malac yawagira ebbago ly'ebintu ebikolerere." }, { "english": "The Genetically Modified Organisms Bill was passed by the Ugandan parliament.", "luganda": "Ebbago ku bintu ebikolerere lyayisibwa palaamenti ya Uganda." }, { "english": "Malac has proved a force on the social scene.", "luganda": "Malac alaze amaanyi mu bantu ba bulijjo." }, { "english": "Ambassador Deborah Malac leaves after a four-year tenure.", "luganda": "Omubaka Deborah Malac agenda oluvunnyuma lw'emyaka ena ku mulimu." }, { "english": "The cameras will enable monitoring of the performance of police officers.", "luganda": "Kkamera zijja kuyambako okulondoola enkola y'abapoliisi." }, { "english": "The closed-circuit television cameras were installed in Kampala Metropolitan Policing Area.", "luganda": "Kkamera enkessi zaateekebwa mu Kampala n'ebitundu ebiriraanyeewo." }, { "english": "The push intensified after the killing of Ibrahim Abiriga.", "luganda": "Akanyigo keeyongera oluvannyuma lw'okuttibwa kwa Ibrahim Abiriga." }, { "english": "Other officers like ministers public servants raise awareness against corruption.", "luganda": "Abakungu ba gavumenti nga baminisita abakozi ba gavumenti ba kwongera ku ddoboozi ku kulwanisa enguzi." }, { "english": "The State House Anti-Corruption Unit is headed by Colonel Edith Nakalema.", "luganda": "Akakiiko akalwanisa enguzi mu maka g'obwa Pulezidenti kakulibwa Edith Nakalema." }, { "english": "Ugandans are dissatisfied about many taking part in the walk leading culprits of corruption.", "luganda": "Bannayuganda si bamativu n'engeri abantu abangi gye beenyigiddemu mu kkubo eribatwala mu abo abeenyigira mu kulya enguzi." }, { "english": "The government usually undertakes piecemeal attempts to fight corruption.", "luganda": "Gavumenti bulijjo amakubo g'eteekawo okumalawo enguzi tegamatiza." }, { "english": "The Court of Appeal upheld a ten-year jail sentence handed to Muhanguzi.", "luganda": "Kkooti ejjulirwamu yalekawo ekibonerezo eky'okusibwa emyaka kkumi ekyaweebwa Muhanguzi." }, { "english": "Sam Emorut Erongot will serve for thirteen years.", "luganda": "Sam Emorut Erongot ajja kuweereza okumala emyaka kkumi n'esatu." }, { "english": "The more members you have the more votes in an election.", "luganda": "Gy'okoma okuba n'abantu abangi gy'okoma okufuna obululu obungi mu kulonda." }, { "english": "Political parties say their voter strength has gone up.", "luganda": "Ebibiina by'obufuzi bigamba nti abantu ababiwagira beeyongedde." }, { "english": "Party members have increased to nine million.", "luganda": "Bamemba b'ekibiina beeyongedde era kati bali obukadde mwenda." }, { "english": "Registration has created fights within and outside the party.", "luganda": "Okwewandiisa kuleeseewo entalo munda ne wabweru w'ekibiina." }, { "english": "So are the figures telling a lie?", "luganda": "Kati olwo emiwendo gitulimba?" }, { "english": "Sixteen million voters were below eighteen years.", "luganda": "Abalonzi obukadde kkumi na mukaaga baali wansi w'emyaka kkumi na munaana." }, { "english": "The population estimates for the year twenty-ten are million people.", "luganda": "Kiteeberezebwa nti omuwendo gw'abantu mu mwaka gwa nkumi bbiri mu kkumi gujja kuba kakadde." }, { "english": "There were many registered voters below eighteen years.", "luganda": "Waaliwo abalonzi bangi abaawandiisibwa naye nga tebaweza myaka kkumi na munaana." }, { "english": "Five million new voters seem unrealistic.", "luganda": "Tekikola makulu kuba nti abalonzi abapya abeeyongeddeko bali obukadde butaano." }, { "english": "The accurate figure will be got after removing ghosts from the voter's register", "luganda": "Omuwendo omutuufu gujja kumanyibwa ng'abalonzi abataliiyo baggiddwa ku lukalala." }, { "english": "Many people participated in the previous elections.", "luganda": "Mu biseera eby'emabega abantu bangi beenyigiranga mu kulonda." }, { "english": "The voter turnout has increased greatly this year.", "luganda": "Omuwendo gw'abalonzi gweyongedde nnyo omwaka guno." }, { "english": "In two thousand ten the voter increase has been one hundred percent.", "luganda": "Mu nkumi bbiri mu kkumi omuwendo gw'abalonzi gweyongedde ebitundu kikumi ku kikumu." }, { "english": "The fertility rate has remained constant since the last population census.", "luganda": "Sipiidi abantu kwe bazaalira esigadde y'emu bukya abantu basemba okubalibwa." }, { "english": "I doubt that people will turn up for voting.", "luganda": "Sikakasa nti abantu banajja okulonda." }, { "english": "There are many security measures put in place.", "luganda": "Eby'okwerinda binywezeddwa." }, { "english": "These incidents show that terrorism is an international security threat.", "luganda": "Ebyaliwo biraga nti obutujju kizibu kya nsi yonna." }, { "english": "Tragic events would be avoided if organizers take basic security measures", "luganda": "Ebizibu eby'amaanyi bisobola okwewalibwa singa abategesi bafaayo ku by'okwerinda." }, { "english": "Other security measures include metal detectors at entrance points to detect bombs.", "luganda": "Ebirala ebisobola okukolebwa kwe kukozesa obuuma obukebera bbomu okukebera abantu ku miryango we bayingirira." }, { "english": "Everyone must be aware of their surroundings at all times.", "luganda": "Buli kiseera buli muntu asaanidde okumanya ekigenda mu maaso w'ali." }, { "english": "Everybody should take interest in what goes on in their neighborhood.", "luganda": "Buli muntu asaanidde okufaayo ku ebyo ebigenda mu maaso ku muliraano." }, { "english": "The public should not panic in the face of these terrorist attacks.", "luganda": "Abantu tebasaanidde kusattira nga waliwo obulumbaganyi bw'abatujju." }, { "english": "By working together we can defeat the terrorists.", "luganda": "Bwe tukolera awamu tusobola okuwangula abatujju." }, { "english": "They make money from nomination fees.", "luganda": "Ssente bazifuna mu ezo eziweebwayo ng'abantu basembebwa." }, { "english": "We wish to give a background to this state of affairs.", "luganda": "Twagala okubabuulira ebikwata ku mbeera eriwo." }, { "english": "The minister is a man of integrity.", "luganda": "Minisita musajja mwesimbu." }, { "english": "Our protest about dividing constituencies has been ignored.", "luganda": "Twawakanya eky'okwawulamu konsitituwensi naye ne batatuwuliriza." }, { "english": "The registration exercise was a failure.", "luganda": "Enteekateeka ez'okuwandiisa abantu tezaatambula bulungi." }, { "english": "People were denied registration on grounds of being foreigners.", "luganda": "Abantu baagaana okubawandiisa nga bagamba nti baali bagwira." }, { "english": "Our protests about these malpractices have not been successful.", "luganda": "Twagezaako okulwanyisa ebikolwa ebyo ebitali bituufu naye ne tulemererwa." }, { "english": "Some were held at roadblocks until nomination was over.", "luganda": "Abamu baabateera emiziziko mu kkubo okutuusa ekiseera ky'okwewandiisa lwe kyaggwaako." }, { "english": "The unopposed candidates all came from one region.", "luganda": "Abeesimbawo abataawakanyizibwa bonna baava mu kitundu kimu." }, { "english": "God is merciful like a mother.", "luganda": "Katonda musaasizi nga maama." }, { "english": "Since the nineteen ninety-six elections there is an average increase of voters.", "luganda": "Okuva mu lukumi mu lwenda kyenda mu mukaaga okutwalira awamu wabaddengawo okweyongera mu muwendo gw'abalonzi." }, { "english": "Maybe some people were unable to witness the voter display exercise.", "luganda": "Oboolyawo abantu abamu tebaasobola kulaba nkalala z'abalonzi ezaatimbibwa." }, { "english": "They should be aware of electronics like radios and mobile phones.", "luganda": "Basaanidde okumanya ebikwata ku tekinologiya gamba ng'owa leediyo n'amasimu." }, { "english": "Their food has been transferred to the stores.", "luganda": "Emmere yaabwe emaze okutwalibwa mu maduuka." }, { "english": "Most constituencies were divided on the choice of candidates.", "luganda": "Konsitituwensi ezisinga obungi tezaakwatagana ku ani ow'okusimbawo." }, { "english": "This says a lot about the fairness we expect from the officers.", "luganda": "Ekyo kituyamba okulaba obanga ddala abakungu ebintu banaabikwata na bwenkanya." }, { "english": "So why were you accused of trying to kill him?", "luganda": "Kati lwaki baakulumiriza nti wagezaako okumutta?" }, { "english": "If I had been involved in his shooting he would be dead.", "luganda": "Singa nnali omu ku abo abaamusindirira amasasi yandibadde mufu." }, { "english": "Did you do business with that gentleman?", "luganda": "Mulina bizineesi gye mwakola n'omwami oyo?" }, { "english": "I am a businessman I do not get involved in politics.", "luganda": "Ndi munnabizineesi era seenyigira mu bya bufuzi." }, { "english": "I will never get involved in the military or political work again.", "luganda": "Siriddamu kwenyigira mu bya magye oba mu bya bufuzi." }, { "english": "He has been handsomely rewarded.", "luganda": "Yaweereddwa empeera nnene." }, { "english": "Both men have been treated as suspects.", "luganda": "Abasajja bombi bateeberezebwa." }, { "english": "They witnessed the shooting yesterday.", "luganda": "Baabaddewo ng'amasasi gakubwa jjo." }, { "english": "The driver was arrested thirty hours later.", "luganda": "Dereeva yakwatiddwa nga wayise essaawa amakumi asatu." }, { "english": "It is not the only government that is seeking his deportation.", "luganda": "Eyo si ye gavumenti yokka eyagala addizibweyo mu nsi ye." }, { "english": "The situation was very tense by the time I arrived.", "luganda": "We nnatuukira embeera yali ya bunkenke." }, { "english": "I went back to the Guest House where I was staying.", "luganda": "Nnaddayo mu kisulo gye nnali nsula." }, { "english": "They took me to prison and dumped me there.", "luganda": "Bantwala mu kkomera ne bankasuka eyo." }, { "english": "So what happens when you start a new company?", "luganda": "Kati olwo kiki ekibaawo ng'otandiseewo kampuni empya?" }, { "english": "They passed by his house first before they left for school.", "luganda": "Baasoose kugenda waka we nga tebannagenda ku ssomero." }, { "english": "The killers came into the house a few days earlier.", "luganda": "Abassi baayingira mu nnyumba ennaku ntono emabega." }, { "english": "They had special keys which allowed them to enter the house easily.", "luganda": "Baalina ebisumuluzo eby'enjawulo ebyabasobozesa okuyingira ennyumba awatali kusiitaana." }, { "english": "They wanted to go into the bedroom and shoot him.", "luganda": "Baali baagala kuyingira mu kisenge bamukube amasasi." }, { "english": "The driver said he stopped the car suddenly.", "luganda": "Dereeva yagamba nti yasiba emmotoka mbagirawo." }, { "english": "He managed to organize a good party.", "luganda": "Yasobola okutegeka akabaga akalungi." }, { "english": "I retired from the army and went into business.", "luganda": "Nnava mu magye ne nnyingira eby'obusuubuzi." }, { "english": "I asked what he told them as the story sounded suspicious.", "luganda": "Nnababuuza kye yabagamba kubanga ebyali byogerwa byalimu amatankane." }, { "english": "I asked if he knows his voice he said never heard him speak.", "luganda": "Nnamubuuza obanga asobola okutegeera eddoboozi lye n'agamba nti teyamuwulira ng'ayogera." }, { "english": "This story of killers coming into the house sounded fishy.", "luganda": "Ebyo bye baali bagamba nti abatemu baayingira mu nnyumba byalimu amatankane." }, { "english": "They always found him asleep in his bedroom.", "luganda": "Buli lwe baagendanga mu kisenge kye baasanganga yeebase." }, { "english": "What type of killers are these?", "luganda": "Bano bassi ba ngeri ki?" }, { "english": "I sometimes worked as a cleaner.", "luganda": "Oluusi nnakolanga gwa kulongoosa." }, { "english": "Children have to eat a balanced diet.", "luganda": "Abaana balina okulya obulungi." }, { "english": "The police have surrounded the village.", "luganda": "Abapoliisi bazinzeeko ekyalo." }, { "english": "All Ugandan vehicles to get new number plates.", "luganda": "Emmotoka zonna mu Uganda zigenda kufuna nnambapuleeti mpya." }, { "english": "The winds are very strong today.", "luganda": "Empewo ekunse nnyo leero." }, { "english": "All these things are against me.", "luganda": "Ebintu bino byonna babitadde ku nze." }, { "english": "The police recorded statements from there.", "luganda": "Poliisi yafunyeeyo sitetimenti." }, { "english": "It all seemed rehearsed.", "luganda": "Byonna birabika byategekeddwa butegekebwa." }, { "english": "Their performance surprised me.", "luganda": "Engeri gye baakozeemu yanneewuunyisizza." }, { "english": "They had an interest in killing him.", "luganda": "Baali baagala kumutta." }, { "english": "From the time he was a rebel leader till he became president.", "luganda": "Okuva lwe yali ng'akulembera ekibiina ky'abayeekera okutuusa lwe yafuuka pulezidenti." }, { "english": "However the gun jammed and then the killer ran away.", "luganda": "Naye emmundu yagaana okukola era omutemu n'adduka." }, { "english": "They managed to shoot the general's daughter.", "luganda": "Kyokka muwala wa genero ye baamukuba amasasi." }, { "english": "The wife and the driver were also injured in the shooting.", "luganda": "Mukyala we ne dereeva nabo baatuusibwako ebisago." }, { "english": "In other counties people are stopped from participating in political campaigns.", "luganda": "Mu masaza amalala abantu babagaana okwenyigira mu kampeyini z'eby'obufuzi." }, { "english": "He said everyone will be regarded as an enemy.", "luganda": "Yagamba nti buli omu ajja kutwalibwa ng'omulabe." }, { "english": "It is not good to imitate people.", "luganda": "Sikirungi okukoppa abantu." }, { "english": "Such a situation would not be allowed in the constituency.", "luganda": "Embeera eyo tesaanidde kukkirizibwa kubaawo mu konsitituwensi." }, { "english": "There are many building projects in that district.", "luganda": "Mu disitulikiti eyo mulimu okuzimba kungi okugenda mu maaso." }, { "english": "The big task ahead of us will be accomplished.", "luganda": "Omulimu omunene ogutulindiridde gujja kutuukirizibwa." }, { "english": "He called on the party members to be firm in their support.", "luganda": "Yakubiriza bamemba b'ekibiina okuwagira mu bujjuvu." }, { "english": "Some members have worked hard to tear apart this party apart.", "luganda": "Bamemba abamu bafubye okwawulayawulamu ekibiina." }, { "english": "We heard patrol soldiers coming in the night.", "luganda": "Twawulira abasirikale abalawunyi nga bajja ekiro." }, { "english": "Who are you a thundering order comes through the darkness?", "luganda": "Eddoboozi eddene lifubutuka mu nzikiza nga ligamba nti Ggwe ani?" }, { "english": "There was a loud thunderstorm last night.", "luganda": "Eggulu lyabwatuse nnyo ekiro." }, { "english": "I was walking to the Senior Quarters where I lived.", "luganda": "Nnali ntambula nga ngenda gye nnali nsula." }, { "english": "She was rescued by soldiers and taken to hospital.", "luganda": "Abasirikale be baamununula ne bamuddusa mu ddwaliro." }, { "english": "The area was on high-security alert.", "luganda": "Eby'okwerinda byanywezebwa mu kitundu." }, { "english": "Her assailants were never identified and arrested.", "luganda": "Abaamutta tebaamanyibwa era tebaakwatibwa." }, { "english": "She has never gotten justice for the murder of her brother.", "luganda": "Tafunanga bwenkanya olw'okuttibwa kwa mwannyina." }, { "english": "There was a heavy presence of soldiers in the town.", "luganda": "Abasirikale bangi baayiibwa mu kibuga." }, { "english": "I could not sit back knowing the area was insecure.", "luganda": "Nnali sisobola kutuula butuuzi nga mmanyi nti ekitundu kirimu obulabe." }, { "english": "The soldiers left her unconscious.", "luganda": "Abasirikale baamuleka azirise." }, { "english": "She was rescued by the patrol police at night.", "luganda": "Yanunulwa poliisi ennawunyi ekiro." }, { "english": "Her story is one of undying resilience and defiance.", "luganda": "Ebyafaayo bye biraga nti ye muntu alemerako era atatiisibwatiisibwa." }, { "english": "Uganda's malaria prevalence rate has been on a downward track.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu abalwala omusujja gw'ensiri mu Uganda gugenze gukendeera." }, { "english": "This success story is not reflective of the situation in the country.", "luganda": "Obuwanguzi obwo tebulaga mbeera eriwo mu ggwanga." }, { "english": "In war-torn regions there is a rise in sexual violence against women.", "luganda": "Mu bitundu omuli entalo omuwendo gw'abakazi abakwatibwa gweyongedde." }, { "english": "In northern Uganda malaria infections are high.", "luganda": "Mu bukiikakono bwa Uganda omuwendo gw'abantu abakwatibwa omusujja gw'ensiri munene." }, { "english": "Nine percent of women in Northern Uganda are infected.", "luganda": "Mu bukiikakkono bwa Uganda abakazi ebitundu mwenda ku buli kikumi bakwatibwa obulwadde." }, { "english": "Girls as young as three years old and women have been raped.", "luganda": "Abawala okuviira ddala ku myaka esatu n'abakazi bakwatibwa." }, { "english": "The women's stories are hardly ever told to the public.", "luganda": "Ebyo abakazi bye bayitamu tebitera kubuulirwa bantu." }, { "english": "The rape and loss of her two children caused her mental damage.", "luganda": "Okukwatibwa n'okufiirwa abaana be ababiri kyakosa obwongo bwe." }, { "english": "She was found to have breast cancer.", "luganda": "Yazuulibwamu kookolo w'amabeere" }, { "english": "My husband knew that I had been raped but never said anything.", "luganda": "Omwami wange yakitegeera nti nnali nkwatiddwa naye n'atabaako ky'ayogera." }, { "english": "He took the corona test but was found negative.", "luganda": "Yeekebeza obulwadde bwa corona naye n'asangibwa nga tabulina." }, { "english": "Her in-laws said she had been unfaithful in her marriage.", "luganda": "Ab'enganda z'omwami we baagamba nti teyali mwesigwa mu bufumbo bwe." }, { "english": "The disclosure of her coronavirus status cost her the marriage.", "luganda": "Bwe kyamanyibwa nti alina corona obufumbo bwe bwasasika." }, { "english": "The husband chased her from the house.", "luganda": "Omwami we yamugoba mu nnyumba." }, { "english": "She got many health problems when she left her marriage.", "luganda": "Yalwala nnyo bwe yava mu bufumbo bwe." }, { "english": "They walk thirty-two miles to Soroti town to get medicine.", "luganda": "Batambula mayiro asatu mu bbiri okugenda e Soroti okufuna eddagala." }, { "english": "An orphaned girl I care for was raped at the age of three.", "luganda": "Omuwala mulekwa gwe ndabirira yakabasanyizibwa nga wa myaka esatu." }, { "english": "After getting the operation her husband accepted her back.", "luganda": "Bwe yamala okulongoosebwa omwami we yamukkiriza okudda awaka." }, { "english": "My husband realized I was not going to die.", "luganda": "Omwami wange yakiraba nti nnali sigenda kufa." }, { "english": "My husband took me back to the house but we slept in separate rooms.", "luganda": "Omwami wange yanzikiriza okukomawo awaka naye twasulanga mu bisenge bya njawulo." }, { "english": "They can’t raise four hundred thousand shillings for an operation.", "luganda": "Tebasobola kufuna emitwalo ana egyetaagisa okusobola okulongoosebwa." }, { "english": "Victims of sexual violations hardly get attention from policymakers.", "luganda": "Ab'obuyinza tebatera kufa ku abo abakabasanyizibwa." }, { "english": "The stigma of rape makes it hard to overcome.", "luganda": "Si kyangu kugumira eky'okuboolebwa ng'omaze okukwatibwa." }, { "english": "She provides paralegal services to victims of sexual violence.", "luganda": "Ayamba abantu abaakabasanyizibwa okufuna obwenkanya mu mateeka ." }, { "english": "The youth will spearhead the development programs.", "luganda": "Abavubuka bajja kuwoma omutwe mu nteekateeka z'enkulaakulana." }, { "english": "Even after the war few cases are reported to the authorities.", "luganda": "N'oluvannyuma lw'olutalo emisango mitono nnyo egiroopebwa mu b'obuyinza." }, { "english": "Another barrier to justice is the lack of trust in the police.", "luganda": "Ekirala ekiremesa abantu okufuna obwenkanya kye ky'okuba nti poliisi teyeesigika." }, { "english": "Gender-based violence is high among couples.", "luganda": "Ebikolwa eby'obukambwe biyitiridde nnyo mu bafumbo." }, { "english": "Women are the main targets of sexual violence.", "luganda": "Abakazi be basinga okukabasanyizibwa." }, { "english": "Sexual violence thrives most in societies without authoritative bodies.", "luganda": "Okukabasanyizibwa kungi nnyo mu bitundu omutali ba buyinza." }, { "english": "The theme intended to find solutions to Africa's most terrible problems.", "luganda": "Omulamwa gwali gwa kufunira ddagala ebizibu bya Afirika ebisinga obunene." }, { "english": "The summit had the task of handling maternal and infant mortality rates.", "luganda": "Olukungaana lwalina omulimu gw'okusala amagezi okukendeeza omuwendo gw'abakazi abafiira mu sanya n'abaana abafa nga bawere." }, { "english": "The continent has witnessed long-term violent conflicts.", "luganda": "Ssemazinga ebaddemu entalo okumala ebbanga ddene." }, { "english": "The sentences had to be validated again.", "luganda": "Sentensi zaalina okuddamu okukeberebwa." }, { "english": "The children's immunity has been compromised.", "luganda": "Obusobozi bw'emibiri gy'abaana okulwanyisa endwadde busse." }, { "english": "Children have to be given a lot of fruits to boost their immunity.", "luganda": "Abaana balina okuweebwa ebibala bingi emibiri gyabwe gisobole okulwanyisa endwadde." }, { "english": "Lung diseases are common among smokers.", "luganda": "Endwadde z'amawuggwe nnyingi nnyo mu banywi ba ssigala." }, { "english": "It is not clear some leaders do not want to talk about peace.", "luganda": "Tekimanyiddwa bulungi lwaki abakulembeze abamu tebaagala kwogera ku mirembe." }, { "english": "Nothing was said about African leaders who commit crimes against humanity.", "luganda": "Tewali kyayogerwa ku bakulembeze ba Afirika abatyoboola eddembe ly'obuntu." }, { "english": "This serves as a strong accusation for Africa.", "luganda": "Ekyo kye balumiriza Afirika kinene nnyo." }, { "english": "Malaria is a killer disease among children.", "luganda": "Omusujja gw'ensiri gutta abaana bangi." }, { "english": "Many deaths are caused by delays in seeking medical care.", "luganda": "Bangi bafa olw'okulwawo okufuna obujjanjabi." }, { "english": "Mothers go to the hospital when they are too sick for doctors to help them.", "luganda": "Bamaama bagenda mu malwaliro nga balwadde nnyo ng'abasawo tebakyasobola na kubayamba." }, { "english": "The maternal problem is worsened by a shortage of health workers.", "luganda": "Ekizibu kya bamaama abafiira mu ssanya kyeyongedde olw'ebbula ly'abasawo." }, { "english": "Maternal mortality rates in Uganda are decreasing.", "luganda": "Omuwendo gw'abakazi abafiira mu ssanya mu Uganda gugenda gukendeera." }, { "english": "The poem was written by a four-year-old child.", "luganda": "Ekitontome kyawandiikibwa mwana wa myaka ena." }, { "english": "She walked into the labor ward and came out alive.", "luganda": "Yagenda mu waadi mwe bazaalira n'avaayo nga mulamu." }, { "english": "Farmers always need to plant before the rains start.", "luganda": "Abalimi basaanidde okusimba ebirime ng'enkuba tennatandika." }, { "english": "Dancers were dancing to the ululating crowds.", "luganda": "Abazinyi baali bazina ng'eno abantu bwe bakuba emizira." }, { "english": "Children should be given enough time to play.", "luganda": "Abaana basaanidde okuweebwa obudde obumala okuzannya." }, { "english": "The disagreement between the people and government has not changed.", "luganda": "Obutakkaanya wakati wa gavumenti n'abantu tebukyukanga." }, { "english": "Lung diseases need to be detected early.", "luganda": "Endwadde z'amawuggwe zisaanidde okuzuulwa nga bukyali." }, { "english": "The disease diagnosis approach is available in all health centers.", "luganda": "Engeri obulwadde gye bukeberebwamu erambikibwa bulungi mu malwaliro gonna." }, { "english": "People need to improve their communication skills.", "luganda": "Abantu balina okulongoosa mu ngeri gye boogeramu." }, { "english": "The government will not transfer a lot of power to the people.", "luganda": "Gavumenti tejja kuwa bantu buyinza bungi." }, { "english": "The palace officials remain defensive of the kingdom's independence.", "luganda": "Abakungu b'omu lubiri bakyalwanirira obwetwaze bw'Obwakabaka." }, { "english": "There has been a lot of pressure applied to immigrants.", "luganda": "Batadde akazito kangi ku bagwiira ." }, { "english": "Lately fires have been destroying schools.", "luganda": "Ensangi zino omuliro gubadde gwokya amasomero." }, { "english": "The cause of the fire that gutted the building in Makerere is still unknown.", "luganda": "Ekyaviirako omuliro ogwayokya ekizimbe e Makerere tekinnamanyibwa." }, { "english": "The police is still investigating the cause of the fire.", "luganda": "Poliisi ekyanoonyereza ekyaviirako omuliro ogwo." }, { "english": "The police has released a report on the cause of the fire.", "luganda": "Poliisi efulumizza alipoota ekwata ku kyaviirako omuliro ogwo." }, { "english": "Many stories indicate that the fire was due to an electrical fault.", "luganda": "Bingi ebyogeddwa biraga nti omuliro ogwo guyinza okuba nga gwava ku kukyankalana kw'amasannyalaze." }, { "english": "The university was advised to have fire extinguishers in every building.", "luganda": "Yunivasite baagigamba eteeke ebizikiza omuliro mu buli kizimbe." }, { "english": "Many people cannot afford the cost of health care in Uganda.", "luganda": "Abantu bangi mu Uganda tebasobola kufuna ssente za bujjanjabi." }, { "english": "The ministry of health needs to reduce child death rates by a third.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulamu kyetaaga okukendeeza omuwendo gw'abaana abafa ekitundu kimu ku buli bisatu." }, { "english": "The scent of roasted meat filled the air.", "luganda": "Evumbe ly'ennyama enkalirire lyabuna empewo." }, { "english": "Coronation is still an important event to celebrate.", "luganda": "Omukolo gw'amatikkira gukyali mukulu okukwata." }, { "english": "The Baganda insisted on attending the event during the lockdown period.", "luganda": "Abaganda baalemerako nti balina okuba ku mukolo ogwo ne mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "We needed to collect more data for the research.", "luganda": "Tukyalina ebirala bye twetaaga okugatta mu kunoonyereza." }, { "english": "Kabaka significantly aided Museveni's Luweero bush war.", "luganda": "Kabaka alina kinene kye yakola okuyamba Museveni mu lutalo lw'e Luweero." }, { "english": "The government was on its way to fulfilling its promise to Baganda.", "luganda": "Gavumenti yali eneetera okutuukiriza kye yasuubiza Abaganda." }, { "english": "When the war ended the people were not rewarded.", "luganda": "Olutalo bwe lwaggwa abantu tebaaweebwa mpeera." }, { "english": "Teacher absenteeism should be avoided.", "luganda": "Eky'abasomesa okwosaayosa okusomesa kisaanidde okukoma." }, { "english": "The challenge of teacher absenteeism is a major problem in the district.", "luganda": "Obuzibu obusinga obunene mu disitulikiti bwa basomesa kwosaayosa kusomesa." }, { "english": "Her motivation was not known.", "luganda": "Ekigendererwa kye tekyamanyibwa." }, { "english": "The work was not checked by the teacher.", "luganda": "Omusomesa teyakebera bye yakola." }, { "english": "Boda Boda riders disregard traffic rules.", "luganda": "Abavuzi ba boodabooda tebagoberera mateeka ga ku nguudo." }, { "english": "Health facilities in the remotest of regions are well-stocked with medicines.", "luganda": "Amalwaliro mu kyalo ekisembayo okuba ewala galimu eddagala." }, { "english": "Medicines are not stolen by health workers operating illegal clinics.", "luganda": "Eddagala teribbibwa basawo balina bulwaliro bwateekebwawo mu ngeri emenya amateeka." }, { "english": "Absenteeism is not an issue because health workers turn up on time.", "luganda": "Abasawo okwosayosa si kizibu kubanga bajjira mu budde." }, { "english": "The impact on intergroup relations should not be ignored.", "luganda": "Engeri gye kikwata ku nkolagana wakati w'abantu abali mu bibinja eby'enjawulo tesaanidde kubuusibwa maaso." }, { "english": "Political campaigns are occasions for bribery of voters.", "luganda": "Kampeyini z'eby'obufuzi zibaamu okugulirira abalonzi." }, { "english": "We have many boda boda riders in Kampala.", "luganda": "Aba boodabooda bangi mu Kampala." }, { "english": "No officers should claim to be above the law.", "luganda": "Tewali mukungu wa gavumenti asaanidde okulowooza nti ali waggulu w'amateeka." }, { "english": "Access to state media by all legal political parties is guaranteed.", "luganda": "Ebibiina by'obufuzi ebyawandiisibwa mu mateeka bya ddembe okukozesa emikutu gy'empuliziganya." }, { "english": "No owner of a private radio station is threatened with closure.", "luganda": "Tewali alina leediyo y'obwannanyini atiisibwatiisibw nti leediyo ye ejja kuggalwa." }, { "english": "Building permits have been given out by the council.", "luganda": "Akakiiko kawa abantu olukusa okuzimba." }, { "english": "When you break the law you suffer the consequences.", "luganda": "Bw'omenya amateeka okisasulira." }, { "english": "There are no publicly known cases of individuals stealing public funds.", "luganda": "Tewali muntu amanyiddwa mu lwatu nti yabba ssente za gavumenti." }, { "english": "No traffic policemen and women are harassing ordinary motorists.", "luganda": "Tewali mupoliisi musajja oba mukazi atulugunya bavuzi ba pikipiki." }, { "english": "Having building regulations is indicative of a strong and organized state.", "luganda": "Okuba n'amateeka agafuga eby'okuzimba kiraga nti eggwanga lya maanyi era nti litegeke." }, { "english": "These are things that do not happen in weak and collapsed states.", "luganda": "Ebintu ebyo tebitera kuba mu ggwanga erinafu oba eriri nnagalaale." }, { "english": "There is bribery in the city council.", "luganda": "Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga kirimu obulyi bw'enguzi." }, { "english": "There are many parameters that should be considered when buying land.", "luganda": "Waliwo ebintu ebitali bimu omuntu by'asaanidde okulowoozaako nga tannagula ttaka." }, { "english": "The land around Kampala is very expensive.", "luganda": "Ettaka mu bitundu ebiriraanye Kampala liri ku buseere." }, { "english": "Fighting corruption is one of the main pillars of government.", "luganda": "Emu ku mpagi za gavumenti enkulu kwe kulwanyisa obulyi bw'enguzi." }, { "english": "Police top the list of institutions where corruption was the highest.", "luganda": "Ekitongole kya Poliisi kikwata kisooka mu bitongole ebisingamu obulyi bw'enguzi." }, { "english": "Respondents were asked about the purpose of the bribe.", "luganda": "Abantu baabuuzibwa ku kigendererwa ky'enguzi." }, { "english": "Findings were added up to rank the institutions with the highest rate of bribery.", "luganda": "Ebintu ebitali bimu byanoonyerezebwako nga basengeka ebitongole ebisingamu obulyi bw'enguzi." }, { "english": "It regularly exposes cases of fraud malpractice and corruption.", "luganda": "Kitera okwanika ebikolwa eby'obulyake n'obulyi bw'enguzi." }, { "english": "Bribery is likely to happen in the police.", "luganda": "Okugulirira kutera okubaawo mu poliisi." }, { "english": "Eighty percent perceive their country to be extremely corrupt.", "luganda": "Abantu kinaana ku buli kikumi eggwaga lyabwe balitwala nti lirimu obulyi bw'enguzi." }, { "english": "The limitations of the work have been identified.", "luganda": "Ebiremesa omulimu okutambula bizuuliddwa." }, { "english": "They ensured that the new government gets no foreign assistance.", "luganda": "Bakakasa nti gavumenti empya tefuna buyambi kuva mu nsi za bweru." }, { "english": "Respondents are asked about the amount of money exchanged.", "luganda": "Abantu babuuzibwa ebikwata ku ssente mmeka eziba zivungisiddwa." }, { "english": "The crisis justifies the waiver of the prescribed procurement procedures.", "luganda": "Obuzibu obwo bulaga ensonga lwaki abantu bangi tebakyagoberera ngeri ntuufu ya kufunamu bintu." }, { "english": "On average seven percent of cases have been reported.", "luganda": "Okutwalira awamu emisango musanvu ku buli kikumi gye giroopeddwa." }, { "english": "What they did was very awful.", "luganda": "Kye baakola kyali kibi nnyo." }, { "english": "Bug bites are harmless to our lives.", "luganda": "Ebiwuka okutuluma tekikosa mbeera ya bulamu bwaffe." }, { "english": "Methane needs to be treated with a process called biogas upgrading.", "luganda": "Omukka gwa methane gusaanidde okukolebwa n'enkola eyitibwa biogas upgrading." }, { "english": "Wish I had more details but that’s all they are revealing.", "luganda": "Nnandyagadde okumanya ebisingawo naye ebyo byokka bye batubuulira." }, { "english": "The results are impressive.", "luganda": "Ebyavuddemu birungi nnyo." }, { "english": "The achievements of the last fifty years inspire you.", "luganda": "Ebituukiddwako mu myaka amakumi ataano egiyise bizzaamu amaanyi." }, { "english": "These are public funds that we are talking about.", "luganda": "Twogera ku nsimbi za muwi wa musolo." }, { "english": "We want to see is a cheque of eight hundred nine shillings.", "luganda": "Kye twagala okulaba ye ceeke eya nnusu lunaana mu mwenda." }, { "english": "What will happen in the primaries will be worse.", "luganda": "Ebinaabaawo mu kusunsulamu bijja kuba bibi n'okusingawo." }, { "english": "It is a sad chapter in the history of the National Resistance Movement.", "luganda": "Kintu kibi mu byafaayo bya NRM." }, { "english": "He will be greatly missed.", "luganda": "Bajja kumusaalirwa nnyo." }, { "english": "The army was in control of the State at that time.", "luganda": "Amagye ge gaali gafuga eggwanga mu kiseera ekyo." }, { "english": "I have never heard of the term blood diamonds before.", "luganda": "Mbadde siwulirangako bigambo blood diamonds." }, { "english": "The word racism was not enough under those circumstances.", "luganda": "Ekigambo obusosoze kyali tekimala kunnyonnyola mbeera eyaliwo mu kiseera ekyo." }, { "english": "You take the front line when there is danger.", "luganda": "Ggwe akulemberamu nga wazzeewo obuzibu." }, { "english": "Then people will appreciate your leadership.", "luganda": "Abantu bajja kwagala nnyo obukulembeze bwo." }, { "english": "It is better to lead from behind and to put others in front", "luganda": "Kiba kirungi okufuga ng'okulembeza eby'abalala mu kifo ky'ebibyo." }, { "english": "The plot in dispute is between the university and a private developer.", "luganda": "Poloti evuddeko enkaayana eri wakati wa yunivasite ne nnanyini bizimbe ebiri ku ttaka eryo." }, { "english": "He was born as the eldest child of a missionary couple.", "luganda": "Yazaalibwa baminsani era ye mwana waabwe asinga obukulu." }, { "english": "These two taught him to treat all men and women equally.", "luganda": "Bazadde be baamuyigiriza okutwala abantu bonna abasajja n'abakazi kyenkanyi." }, { "english": "Later in his youth he wandered away from the faith.", "luganda": "Bwe yavubuka yava mu kkubo ery'okukkiriza lye baali bamukulizzaamu." }, { "english": "He embraced all his battles including his last illness with patience.", "luganda": "Yayoleka obugumiikiriza ng'ayolekagana n'ebizibu byonna nga mw'otwalidde n'obulwadde bwe yasembayo okufuna." }, { "english": "He was a father with an enduring and steady faith in the goodness of humanity.", "luganda": "Yali taata eyali akkiririza ennyo mu kukolera abalala ebirung." }, { "english": "Above all he was a Ugandan nationalist.", "luganda": "N'ekisinga byonna yali Munnayuganda alina mwoyo gwa ggwanga." }, { "english": "When someone falls ill they can go to any hospital.", "luganda": "Omuntu bw'alwala asobola okugenda mu ddwaliro lyonna." }, { "english": "His job is to mobilize sick people to go to hospitals.", "luganda": "Omulimu gwe gwa kukunga bantu balwadde kugenda mu ddwaliro." }, { "english": "He has achieved one hundred percent success in this too.", "luganda": "Kino nakyo akikoze bulungi nnyo kikumi ku kikumi." }, { "english": "But why support him with wasted excitement?", "luganda": "Naye lwaki asaanidde okuwagirwa?" }, { "english": "Many people at these rallies are very happy.", "luganda": "Abantu bangi ku nkungaana ezo baba basanyufu nnyo." }, { "english": "I am a foreign journalist seeking to know what animates the campaigns.", "luganda": "Ndi munnamawulire ow'ebweru ayagala okumanya ekireetera abantu okucamuukirira ennyo mu kampeyini." }, { "english": "He turns immediately to answer my questions.", "luganda": "Amangu ddala akyuka okuddamu ebibuuzo byange." }, { "english": "The government gave me this mobile phone", "luganda": "Gavumenti ye yampa essimu eno ey'omu ngalo." }, { "english": "I have signed up three hundred ninety-one people in my village.", "luganda": "Mpandiisizza abantu bisatu mu kyenda mu omu ku kyalo kyange." }, { "english": "He begins to speak as if addressing a political gathering.", "luganda": "Atandika okwogera ng'alinga ayogerera mu lukungaana lw'eby'obufuzi." }, { "english": "He has forgiven those who participated in the racial killing.", "luganda": "Yasonyiwa abo abeenyigira mu kitta bantu." }, { "english": "I have seven children and all of them go to school for free.", "luganda": "Nnina abaana musanvu era bonna basomera bwereere." }, { "english": "He has given us health insurance and farmers are getting cows.", "luganda": "Atuwadde yinsuwa y'obujjanjabi era abalimi abawa ente." }, { "english": "We had not seen a president like this before.", "luganda": "Twali tetufunangako pulezidenti bw'ati." }, { "english": "A small crowd of curious onlookers is surrounding us.", "luganda": "Abantu abatonotono abaagala okumanya ekigenda mu maaso batwetoolodde era batutunuulidde." }, { "english": "It seems to bring discomfort when you ask them about it.", "luganda": "Bw'obabuuza ebikwata ku nsonga eyo kibayisa bubi." }, { "english": "My husband used to beat me.", "luganda": "Omwami wange yankubanga." }, { "english": "The president told us to report such men to local authorities.", "luganda": "Pulezidenti yatugamba okuloopa abasajja ng'abo mu b'obuyinza." }, { "english": "So I did and he was arrested.", "luganda": "Era ekyo kye nnakola n'akwatibwa." }, { "english": "From then he stopped beating me.", "luganda": "Okuva ku olwo yalekera awo okunkuba." }, { "english": "The friend had also been a victim of domestic violence.", "luganda": "Ne mukwano gwe naye yali atulugunyizibwa mu maka." }, { "english": "He later escaped because he was part of the racial killing.", "luganda": "Oluvannyuma yatoloka olw'okuba yali omu ku abo abeenyigira mu kitta bantu." }, { "english": "The men at these gatherings would exercise some self-control.", "luganda": "Abasajja mu nkungaana zino beefugangamuko." }, { "english": "He is a handsome charming man and has a firm character.", "luganda": "Musajja alabika bulungi era mucamufu era anywerera ku nsonga." }, { "english": "The women and children see him as a liberator.", "luganda": "Abakazi n'abaana bamutwala ng'omununuzi." }, { "english": "Some may be faking it but many are being true.", "luganda": "Abamu beefuula bwefuuzi naye bangi ba mazima." }, { "english": "The crowd has responded with wild cheering.", "luganda": "Abantu bamwanukudde n'emizira." }, { "english": "Does such cheering suggest that it is succeeding?", "luganda": "Emizira ng'egyo giraga nti agenda kutuuka ku buwanguzi?" }, { "english": "The professor is the presidential advisor.", "luganda": "Profesa ye muwi w'amagezi wa pulezidenti." }, { "english": "Today he runs a campaign purely on public policy issues.", "luganda": "Leero akuba kampeyini ng'ayogera ku nsonga eziruma abantu." }, { "english": "While the country has made progress it can do even better.", "luganda": "Wadde nga wabaddewo okukulaakulana mu ggwanga likyasobola okweyongera okukulaakulana." }, { "english": "His candidate promises to increase the agricultural sector budget by ten percent.", "luganda": "Gw'awagira asuubiza okwongera ssente mu by'obulimi ebitundu kkumi ku buli kikumi." }, { "english": "It promises to take primary schools up to village level", "luganda": "Esuubiza okuteeka amasomero ga pulayimale mu byalo." }, { "english": "It is rare to find a campaign in Africa that is fought on issues.", "luganda": "Mu Afirika kizibu okufuna kampeyini ng'ekwata ku nsonga ezirumu eggumba." }, { "english": "Focus on public policy issues is a rule enforced by the Request For Proposal.", "luganda": "Ekiwandiiko ekiyitibwa Request For Proposal kigendereddwa okukakasa nti essira lissibwa ku nsonga eziruma bantu." }, { "english": "He does this to prevent them from going to traditional healers.", "luganda": "Ekyo akikola okubalemesa okugenda mu basawo ab'ekinnansi." }, { "english": "Her face was shining and her mouth opened with a joyful smile.", "luganda": "Yali ajjudde akamwenyumwenyu mu maaso." }, { "english": "Domestic violence ended after reporting her husband to local authorities.", "luganda": "Omwami we yalekera awo okumutulugunya oluvannyuma lw'okumuloopa mu b'obuyinza." }, { "english": "If she builds herself a house the government would provide iron sheets.", "luganda": "Bw'asalawo okwezimbira ennyumba gavumenti ejja kumuwa amabaati." }, { "english": "This was an abnormal percentage in competitive democratic elections.", "luganda": "Ebitundu kwe yawangulira tebyali bya bulijjo mu kulonda kwa dimokulasiya okulimu okuvuganya." }, { "english": "When he jumps security barriers to shake hands they run wild.", "luganda": "Bw'ayita ku bakuumi n'akwata abantu mu ngalo abantu bafa essanyu." }, { "english": "It also mobilized it to kill their friends in-laws and relatives", "luganda": "Ate era kyakubiriza abantu okutta mikwano gyabwe n'ab'enganda zaabwe" }, { "english": "Leaders can actively promote national unity and succeed.", "luganda": "Abakulembeze basobola bulungi okutumbula obumu mu ggwanga." }, { "english": "His level of education may have given him an anti-societal political attitude.", "luganda": "Obuyigirize bwe buyinza okuba nga bwamuleetera obutaagala kukolagana na bantu." }, { "english": "She claims credit for the Railway Protection Force's achievements.", "luganda": "Agamba nti ye yasobozesa ekitongole kya Railway Protection Force okutuuka ku bintu bye kyatuukako." }, { "english": "This is because it is the leader of the federation government.", "luganda": "Ekyo kiri kityo olw'okuba ye mukulembeze wa gavumenti." }, { "english": "Any slight deviation towards ethnicity and you are disqualified.", "luganda": "Singa okiraga mu ngeri yonna nti olinamu obusosoze osazibwamu." }, { "english": "This is regarding ethnicity to the extent that it gets involved in the conflict.", "luganda": "Kino kikwata ku busosoze mu mawanga obuyinza okuvaako entalo." }, { "english": "The resolution was in agreement passed.", "luganda": "Bakkiriziganya ku kiteeso ne kiyisibwa." }, { "english": "This is why you elected me as President of our Movement.", "luganda": "Eyo ye nsonga lwaki mwanonda okuba omukulembeze w'ekibiina kyaffe." }, { "english": "It could cost us if we lost an election.", "luganda": "Kijja kutufiiriza nnyo singa tetuwangula kulonda." }, { "english": "Elections must be postponed to make better arrangements.", "luganda": "Okulonda kulina okwongezebwayo okutusobozesa okukola enteekateeka ennungi." }, { "english": "Future generations will never forgive us for this.", "luganda": "Ab'omulembe oguddako tebajja kutusonyiwa olwa kino." }, { "english": "The issue is on all ballot boxes.", "luganda": "Ensonga ekwata ku busanduuko bw'obululu bwonna." }, { "english": "That would not happen with a free and fair election.", "luganda": "Ekyo tekisobola kubaawo mu kulonda okw'amazima n'obwenkanya." }, { "english": "This should be reversed to have a free and fair election.", "luganda": "Ekyo kirina okutereezebwa okusobola okuba n'okulonda okw'amazima n'obwenkanya." }, { "english": "He has done this before and he is can do it again.", "luganda": "Yakikolako era asobola okuddamu okukikola." }, { "english": "His political motive was to eliminate his rivals.", "luganda": "Yalina ekigendererwa eky'okumalawo bannabyabufuzi bonna abaali bamuvuganya." }, { "english": "Businessmen and tycoons were bitter because of the lockdown.", "luganda": "Bannabyabusuubuzi n'abagagga omuggalo gwabanyiiza nnyo." }, { "english": "Participants said they have already decided whom to vote.", "luganda": "Abalonzi baagamba nti baali bamaze dda okusalawo gwe banaalonda." }, { "english": "We will vote for those who have worked for us.", "luganda": "Tujja kulonda abo abalina kye batukoledde." }, { "english": "The town is all dotted with yellow posters.", "luganda": "Ekibuga kyonna kitimbiddwa ebipande bya langi ya kyenvu." }, { "english": "Other parties are there but scarce so people do not know them.", "luganda": "Waliwo ebibiina ebirala naye si bimanyifu era eyo ye nsonga lwaki abantu tebabimanyi." }, { "english": "People are poor and they often prefer to fill their bellies for the day.", "luganda": "Abantu baavu era basinga kwagala kufuna mmere ya leero." }, { "english": "When leaders come back for meetings residents ask them for money.", "luganda": "Abakulembeze bwe bakomawo okukuba enkungaana abantu babasaba ssente." }, { "english": "The activities included civic education training public debates on radio.", "luganda": "Ebyakolebwa mwalimu okuyigiriza ku ddembe ly'obuntu n'obuvunaanyizibwa abantu bwe balina era n'okukubaganya ebirowoozo ku leediyo." }, { "english": "As a result of these tensions people prefer to vote for their tribesmen.", "luganda": "Olw'obunkenke obwo abantu baagala kulonda bantu ba mawanga gaabwe." }, { "english": "Ethnic tensions are caused by competition for natural resources.", "luganda": "Obunkenke wakati w'abantu ab'amawanga ag'enjawulo buva ku kulwanirira bya bugagga bya nsi." }, { "english": "The government created counties and constituencies", "luganda": "Gavumenti yateekawo amasaza ne konsitituwensi." }, { "english": "The government hopes the two tribes get equal representation.", "luganda": "Gavumenti eyagala ebika ebibiri bikiikirirwe kyenkanyi ." }, { "english": "The observers say that this might be a recipe for severe divisions.", "luganda": "Abatunuulizi bagamba nti kino kisobola okuvaako enjawukana ez'amaanyi." }, { "english": "Tribe-based voting denies the electorate responsible leaders.", "luganda": "Okulonda okwesigamiziddwa ku mawanga kulemesa okulonda abakulembeze abalungi." }, { "english": "Poor leadership and service delivery are evident in the district.", "luganda": "Omutindo gw'abakulembeze n'empeereza gwa wansi mu disitulikiti." }, { "english": "We are still in the prison of malaria.", "luganda": "Tukyatawaanyizibwa nnyo omusujja gw'ensiri." }, { "english": "People die because they cannot access treatment.", "luganda": "Abantu bafa olw'obutasobola kufuna bujjanjabi." }, { "english": "They can get drugs from government health institutions.", "luganda": "Basobola okufuna eddagala okuva mu malwaliro ga gavumenti." }, { "english": "People die every day even when the disease is preventable.", "luganda": "Bulijjo abantu bafa wadde ng'obulwadde obwo busobola okwewalibwa." }, { "english": "Large bodies of stagnant water breeds mosquitoes.", "luganda": "Ensiri zizaalira mu mazzi amangi agatatambula." }, { "english": "These insects prefer feeding on human blood to an animal.", "luganda": "Ensiri zaagala nnyo okunuuna omusaayi gw'abantu okusinga ogw'ensolo." }, { "english": "People only turn up when they know there are donations.", "luganda": "Abantu bajja olwo lwokka lwe bawulira nti waliyo okugaba ebintu." }, { "english": "Activities help people to be active in the local decision-making processes.", "luganda": "Ebintu ebyo biyamba abantu okwenyigira mu bisalibwawo." }, { "english": "The thirst for political office is a major cause of the tensions.", "luganda": "Okwagala ennyo ebifo by'obuyinza kye kisinze okuvaako obunkenke." }, { "english": "The government wanted to increase political offices for the two tribes.", "luganda": "Gavumenti yali eyagala okwongera ku bifo by'ebika ebyo ebibiri." }, { "english": "The move might break the district apart instead of uniting it.", "luganda": "Ekyo kye baagala okukola kiyinza okwongera okuleetawo enjawukana mu disitulikiti mu kifo ky'okuleetawo obumu." }, { "english": "Seven million Insecticide Treated Nets are needed to protect the populations.", "luganda": "Obutimba bw'ensiri obukadde musanvu obulimu eddagala bwe bwetaagibwa okusobola okukuuma abantu." }, { "english": "Spraying is better.", "luganda": "Okufuuyira kusinga." }, { "english": "Resistance comes in when you interrupt the flow of spraying.", "luganda": "Obuzibu bujjawo singa otaataaganya emitendera gy'okufuuyira." }, { "english": "Spraying is effective in destroying malaria.", "luganda": "Okufuuyira kuyamba nnyo mu kumalirawo ddala omusujja gw'ensiri." }, { "english": "Cases then fell to thirty in September and twenty-five in October.", "luganda": "Abantu abaalwala baakendeera ne batuuka ku bantu asatu mu Ssebutemba era ne batuuuka ku bantu abiri mu bataano mu Okitobba." }, { "english": "Different chemicals used in spraying have different durations of effectiveness.", "luganda": "Eddagala ery'enjawulo erikozesebwa mu kufuuyira limala ebiseera bya njawulo nga likyakola." }, { "english": "The chemicals appeared to have worked.", "luganda": "Kirabika eddagala lyakola." }, { "english": "Eight hundred thousand houses have been sprayed in eight districts.", "luganda": "Amayumba emitwalo kinaana mu disitulikiti munaana gafuuyiddwa ." }, { "english": "Only six million people were protected.", "luganda": "Abantu obukadde mukaaga bokka be baalina obukuumi." }, { "english": "Many people refuse to have their homes sprayed.", "luganda": "Abantu bangi baagaana amayumba gaabwe okufuuyirwa." }, { "english": "Women should occupy at least thirty percent of all decision-making organs.", "luganda": "Ku bantu abakola mu bitongole ebisalawo abakazi basaanidde okuba waakiri ebitundu asatu ku buli kikumi." }, { "english": "The youth and the disabled also have a representative in the parliament.", "luganda": "Abavubuka n'abaliko obulemu nabo balina abakiise mu paliyamenti." }, { "english": "Recruits are drawn from all parts of the country and all tribal groups.", "luganda": "Abakozi babajja mu bitundu by'eggwanga byonna era ne mu mawanga gonna." }, { "english": "Public institutions advertise the available job opportunities through the commission.", "luganda": "Ebitongole bya gavumenti birangirira emirimu okuyitira mu kakiiko." }, { "english": "The exams are prepared by consultants or university lecturers.", "luganda": "Ebigezo bitegekebwa abeebuuzibwako oba abasomesa b'oku yunivasite." }, { "english": "Qualifying candidates should get above seventy percent in the exams.", "luganda": "Abo abayita balina okufuna waggulu w'ebitundu nsanvu ku buli kikumi mu bigezo ebyo." }, { "english": "The same process is employed in the awarding of scholarships.", "luganda": "Enkola eyo y'emu y'egobererwa mu kugaba sikaala." }, { "english": "The selections are based on merit rather than political bond.", "luganda": "Abantu abalondebwa balina okuba nga bagwana so si lwa kuba ba kibiina ekimu eky'eby'obufuzi." }, { "english": "Lecturers were either murdered or run away from the country.", "luganda": "Abasomesa b'oku yunivasite bayinza okuba nga battibwa oba nga badduka mu ggwanga." }, { "english": "It was not enough to say “never again” to the racial killing.", "luganda": "Kyali tekimala kugamba bugambi nti tetujja kuddamu kwenyigira mu kitta bantu." }, { "english": "Only the rule of law would help heal the bitter divisions.", "luganda": "Enfuga egoberera amateeka ye yokka eyinza okumalawo enjawukana." }, { "english": "They can use the tribal identity views to get political power.", "luganda": "Basobola okwesigama ku mawanga okufuna obuyinza." }, { "english": "Some politicians have indeed been accused of racial killing ideas.", "luganda": "Bannabyabufuzi abamu balumiriziddwa olw'okuba n'endowooza z'ekitta bantu ez'esigamiziddwa ku mawanga." }, { "english": "Politicians develop ideas and work towards teaching them.", "luganda": "Bannabyabufuzi bafuna endowooza era ne bafuba okuzibunyisa mu bantu." }, { "english": "Bendiocarb will be rolled out after training health assistants.", "luganda": "Eddagala lya bendiocarb lijja kugabibwa oluvannyuma lw'okutendeka abasawo." }, { "english": "Health officials tried to stop mosquitoes from developing resistance.", "luganda": "Ab'eby'obulamu baagezaako okulemesa ensiri okugumira eddagala." }, { "english": "Malaria kills one million children around the world each year.", "luganda": "Omusujja gw'ensiri gutta abaana akakadde kamu mu nsi yonna buli mwaka." }, { "english": "Results were promising as the disease was almost eliminated.", "luganda": "Ebyali bivaamu byali biwa essuubi kubanga kumpi obulwadde bwonna bwali bumaliddwawo." }, { "english": "Massive sensitization on the prevention of malaria was done.", "luganda": "Baanyiikirira okusomesa abantu ku ngeri gye bayinza okwewala omusujja gw'ensiri." }, { "english": "The findings give clues to potential weak points in the pathway.", "luganda": "Ebyazuulwa biraga awayinza okuba ebituli mu kaweefube ono." }, { "english": "The deadliest malaria parasite uses a double branched metabolic pathway.", "luganda": "Akawuka akaleeta omusujja gw'ensiri kakozesa enkola eyitibwa double branched metabolic pathway." }, { "english": "Malaria parasite needs this molecule to succeed within a host organism.", "luganda": "Akawuka akaleeta omusujja gw'ensiri keetaaga akatofaali ako okusobola okusigala nga kalamu mu mubiri gw'omuntu." }, { "english": "The pathway sits at the heart of several other biological processes.", "luganda": "Enkola eyo ekozesebwa nnyo ne mu mbeera endala." }, { "english": "The scientists will explore how the parasite is involved in metabolic control.", "luganda": "Bannasaayansi bajja kunoonyereza ku ngeri akawuka ako gye keenyigira mu nkola y'omubiri." }, { "english": "This is according to a report published in the journal.", "luganda": "Bino bisinziira ku alipoota eyafulumira mu magazini." }, { "english": "Two hundred forty-seven million people were infected with malaria.", "luganda": "Abantu obukadde bibiri mu ana mu musanvu be baakwatibwa omusujja gw'ensiri." }, { "english": "This ensures that recruitment into government employment is done on merit.", "luganda": "Kino kikakasa nti abantu abaweebwa emirimu gya gavumenti ddala baba bagwana." }, { "english": "It was a belief that the rule of law would ensure peace and democracy", "luganda": "Kyali kirowoozebwa nti enfuga eyeesigamiziddwa ku mateeka ejja kuleetawo emirembe ne demokulase." }, { "english": "The men running things seem aware of the challenges ahead.", "luganda": "Kirabika abasajja abaddukanya ebintu bamanyi okusoomooza okuboolekedde." }, { "english": "He says this makes it ineffective.", "luganda": "Agamba nti ekyo kikireetera obutakola bulungi." }, { "english": "Even with the right people operations will not be run efficiently.", "luganda": "Ne bwe bafuna abantu abatuufu emirimu tegijja kutambula bulungi." }, { "english": "We must have a fresh start.", "luganda": "Tulina okutandika buto." }, { "english": "The personal story of the artist gives an interesting dimension to his exhibition.", "luganda": "Ebikwata ku musiizi w'ebifaananyi oyo byongera okutuwa ekifaananyi ekigaziko ku mirimu gye." }, { "english": "This job rendered him idle most of the time", "luganda": "Omulimu ogwo gwamuleetera okuba awo ebiseera ebisinga nga talina ky'akola." }, { "english": "He is showcasing his first solo exhibition.", "luganda": "Guno gwe mulundi ogusoose okwolesa emirimu gye nga yeetengeredde yekka." }, { "english": "Is the passion poured out in the combination of colors?", "luganda": "Okwagala kw'alina eri okusiiga ebifaananyi kweyolekera mu nsengeka ya langi?" }, { "english": "A vehicle maintenance schedule helps to keep the vehicle in good condition.", "luganda": "Okuba n'enteekateeka ey'okukebera n'okudaabiriza emmotoka kiyamba emmotoka okusigala ng'eri mu mbeera nnungi." }, { "english": "Which services should be performed and how often?", "luganda": "Biki ebirina okukolebwako era birina kukolebwako buli luvannyuma lwa bbanga ki?" }, { "english": "Vehicle service shops are in the business to make money.", "luganda": "Abakola saaviisi z'emmotoka ekigendererwa kyabwe ekikulu kya kukola ssente." }, { "english": "How does one know the services and timing?", "luganda": "Omuntu ayinza atya okumanya saaviisi ow'okukola n'ekiseera eky'okumukoleramu?" }, { "english": "Used vehicles should include a scheduled maintenance booklet.", "luganda": "Emmotoka ezikozesebwa zirina okubaamu akatabo akalaga ddi saaviisi lw'akoleddwa." }, { "english": "Keep in mind the routine services listed.", "luganda": "Kuumira mu birowoozo saaviisi alagibwa alina okukolebwa." }, { "english": "Vehicles driven on bad roads need to be serviced more often.", "luganda": "Emmotoka ezivugirwa ku nguudo embi zirina okukolebwa saaviisi emirundi mingi." }, { "english": "How often should maintenance be performed?", "luganda": "Saaviisi alina kukolebwa buli luvannyuma lwa bbanga ki?" }, { "english": "It may list a time frame that a particular service should be done.", "luganda": "Kiyinza okulaga ekiseera ekirina okuyitawo saaviisi omu okukolebwa." }, { "english": "It may show an oil change to be performed at five thousand miles.", "luganda": "Kiyinza okulaga nti woyiro alina kukyusibwa buli luvannyuma lwa mayiro nkumi ttaano." }, { "english": "Six months since the last service the oil should be changed.", "luganda": "Woyiro alina okukyusibwa buli luvannyuma lw'emyezi mukaaga bukya saaviisi asemba kukolebwa." }, { "english": "All types of routine maintenance services must be performed.", "luganda": "Byonna ebirina okukolebwa saaviisi birina okukolebwako." }, { "english": "The different types of services vary from one vehicle to another.", "luganda": "Saaviisi ayawukana okusinziira ku mmotoka." }, { "english": "The major services are usually performed at thirty thousand miles intervals.", "luganda": "Saaviisi ez'amaanyi zitera kukolebwa buli luvannyuma lwa mayiro emitwalo esatu." }, { "english": "The newer vehicle models require fewer services than previous models.", "luganda": "Enkola z'emmotoka empya zeetaagisa saaviisi mutono okusinga ku mmotoka ez'enkola enkadde." }, { "english": "Many newer models do not require coolant change.", "luganda": "Nyingi ku mmotoka ez'enkola empya tezeetaaga kukyusa coolant." }, { "english": "Some of the routine maintenance services include engine oil and filter change", "luganda": "Ebimu ku bintu ebyetaaga okukyusibwa buli luvannyuma lw'ekiseera mwe muli woyiro wa yingini n'akatimba" }, { "english": "When a vehicle is scheduled for service an oil change is done.", "luganda": "Emmotoka bw'ekolebwa saaviisi ne woyiro waayo akyusibwa." }, { "english": "The service facility should perform a comprehensive inspection.", "luganda": "Abakola saaviisi balina okugikebera obulungi." }, { "english": "Tyres and brakes are safety wear items that don't need routine maintenance.", "luganda": "Emipiira n'ebisiba tebyetaaga kukolebwa saaviisi buli kiseera." }, { "english": "Tyres and brakes should be checked and replaced if necessary.", "luganda": "Emipiira n'ebisiba bisaanidde okukeberebwa n'okukyusibwa bwe kiba nga kyetaagisa." }, { "english": "Wiper blades alignments and engine drive belts should be checked.", "luganda": "Wayipa obutereevu bw'emipiira n'enkoba eziba ku yingini bisaanidde okukeberebwa." }, { "english": "If brakes are neglected the brake pads could cut into the brake rotors.", "luganda": "Singa ebiziyiza biragajjalirwa biggwaako ebyuma ne bitandika okwekuuta." }, { "english": "Worn-out brakes and tyres will hinder the vehicle’s ability to stop.", "luganda": "Ebiziyiza n'emipiira bwe biggwerera emmotoka erekera awo okusiba obulungi." }, { "english": "Worn-out tyres affect braking.", "luganda": "Emipiira egigweredde gireetera emmotoka obutasiba bulungi." }, { "english": "Up to twelve people were seriously injured.", "luganda": "Abantu kkumi na babiri baafunye ebisago eby'amaanyi." }, { "english": "Adopting new systems will be made the top of the agenda.", "luganda": "Okukozesa enkola empya kye kigenda okusoosowazibwa mu binaayogerwako." }, { "english": "It will tell whether fans will fill the stadia to support them.", "luganda": "Kijja kulaga obanga abawagizi banaakubako ekisaawe okubawagira." }, { "english": "There appears to be an issue with the setting.", "luganda": "Wayinza okubaawo obuzibu n'embeera mwe kiri." }, { "english": "This is the reason for sexy women in their paintings.", "luganda": "Eyo ye nsonga lwaki mu bifaananyi bye basiize mulimu ebimyula by'abakazi." }, { "english": "This gives it a natural look.", "luganda": "Kino kikirabisa bulungi." }, { "english": "This eases the struggle to translate the ideal nature of paintings", "luganda": "Ekyo kikifuula kyangu okutegeera ekifaananyi." }, { "english": "This led him into the harsh environment of art galleries.", "luganda": "Ekyo kyamuleetera okubeera mu bifo mwe batimba ebifaananyi ebitali byangu." }, { "english": "He is unable to add his voice to the fight for environmental action.", "luganda": "Tasobola kubaako ky'ayogera ku kulwanirira obutonde." }, { "english": "What services should be performed on a particular vehicle?", "luganda": "Saaviisi ki ezirina okukolebwa ku mmotoka?" }, { "english": "This booklet may be incorporated into the owner’s manual.", "luganda": "Akatabo kano kasobola okufuuka akatabo akawa akozesa obulagirizi." }, { "english": "This would impose additional expenses on the repair.", "luganda": "Kino kisobola okwongera ku nsaasaanya ekolebwa mu kuddaabiriza." }, { "english": "These were due to financial aid from overseas.", "luganda": "Bino byava ku buyambi bw'eby'ensimbi obwafunibwa okuva mu nsi z'ebweru." }, { "english": "There are divisions on the authority of the scripture.", "luganda": "Waliwo abatakkiririza mu kyawandiikibwa ekyo." }, { "english": "These people were not armed.", "luganda": "Abantu bano tebaabadde na bissi." }, { "english": "I don’t know why they were attacked.", "luganda": "Simanyi lwaki baabalumbye." }, { "english": "Our investigations are still ongoing.", "luganda": "Tukyanoonyereza." }, { "english": "Our politicians take gifts to their constituents.", "luganda": "Bannabyabufuzi bawa abantu ebirabo." }, { "english": "This constitutes the most dangerous form of corruption.", "luganda": "Obwo bulyi bwa nguzi bwa mutawaana nnyo." }, { "english": "These practices feed off the social values of our people.", "luganda": "Enneeyisa ezo ziva ku ndowooza abantu baffe ze balina." }, { "english": "Ordinary people have little say over the political process.", "luganda": "Abantu ba bulijjo balina kitono kye basobola okukola ku mbeera y'eby'obufuzi." }, { "english": "The reformer would have to curtail elite privileges.", "luganda": "Ayagala okuleetawo enkyukakyuka alina okulekayo enkizo ezimu." }, { "english": "Being the loudest and articulate section of society.", "luganda": "Be basinga okuwulikika n'okusengeka obulungi ebigambo." }, { "english": "They defend their privileges in the language of rights.", "luganda": "Balwanirira enkizo ze balina nga bagamba nti balwanirira ddembe." }, { "english": "The reformer cannot rally ordinary people because they are semi-literate.", "luganda": "Ayagala okuleetawo enkyukakyuka tasobola kwesigama ku bantu ba bulijjo kubanga tebalina buyigirize bwa maanyi." }, { "english": "They do not speak on radio television or write in newspapers.", "luganda": "Teboogerera ku leediyo ku ttivi era tebabaako bye bawandiika mu mpapula z'amawulire." }, { "english": "If the opposition could organize ordinary people who suffer the disgrace.", "luganda": "Singa ab'oludda oluvuganya bakunga abantu aba bulijjo abasinga okufeebezebwa." }, { "english": "We know what the opposition is against not what it stands for.", "luganda": "Tumanyi ki ab'oludda oluvuganya kye bawakanya so si kye bali." }, { "english": "The game-changing support comes from organized constituencies.", "luganda": "Obuwagizi obusobola okuleetawo enkyukakyuka buva mu konsitituwensi ezitegekeddwa obulungi." }, { "english": "This has made many wonder which way the Anglican faith is taking.", "luganda": "Ekyo kireetedde bangi okwebuuza wa enzikiriza y'Abangirikaani gy'eraga." }, { "english": "The government should commit itself to investigating the accusations.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okufaayo okunoonyereza ku bye balumiriza." }, { "english": "They removed their teeth and slaughtered cows.", "luganda": "Baggyamu amannyo gaabwe ne basala ente." }, { "english": "This was since the government launched the “disarmament program”.", "luganda": "Kino kibadde kityo okuva gavumenti lwe yatongoza enteekateeka ey'okuggya emmundu ku bantu." }, { "english": "The disarmament exercise will become a human rights nightmare.", "luganda": "Enteekateeka ey'okuggya emmundu ku bantu ejja kuleetawo okusoomooza kwa maanyi mu nsonga y'eddembe ly'obuntu." }, { "english": "This shows that they are not aware of the hatred and pain.", "luganda": "Ekyo kiraga nti tebalina kye bamanyi ku bukyayi ne ku bulumi." }, { "english": "Problems such as land tenure poor healthcare and education still exist.", "luganda": "Ebizibu gamba ng'obwannanyini ku ttaka omutindo ogw'obujjanjabi n'obuyigirize ogwa wansi bikyaliwo." }, { "english": "Only if he can be made to drop to seventy percent in the west.", "luganda": "Singa basobola okumuleetera okukka n'atuuka ku bitundu nsavu ku buli kikumi mu bitundu by'ebugwanjuba." }, { "english": "Unless he develops a game-changing strategy for all regions.", "luganda": "Okuggyako ng'afunyeeyo enkola endala esobola okuleetawo enkyukakyuka mu bitundu byonna." }, { "english": "A change of guard but not a fundamental change in our politics.", "luganda": "Waliwo enkyukakyuka mu bukuumi naye okutwalira awamu eby'obufuzi byaffe tebikyuse." }, { "english": "These allow them to capture the masses.", "luganda": "Ekyo kibasobozesa okuleetera abantu okubassaako ebirowoozo." }, { "english": "They give them small gifts like paying fees and medical bills.", "luganda": "Babawa ebirabo ebitonotono gamba ng'okubasasulira ebisale by'essomero n'eby'eddwaliro." }, { "english": "They attach great importance to expressions of personal kindness.", "luganda": "Bakitwala nga kikulu okukola ebikolwa eby'ekisa." }, { "english": "They have a limited voice in it.", "luganda": "Tebakirinaamu ddoboozi lya maanyi." }, { "english": "They find sympathy in international human rights and humanitarian groups.", "luganda": "Ebitongole ebirwanirira eddembe ly'obuntu bibalwanirira." }, { "english": "This comes with the claims for “human rights” by the elite.", "luganda": "Kino abantu ab'amaanyi bakireeta mu kifaananyi ky'okulwanirira eddembe ly'obuntu." }, { "english": "The alternative of a real democratic agenda is rooted in the pursuit of social justice.", "luganda": "Engeri endala ey'okulwanirira demokulasiya kwe kufuba okulwanirira obw'enkanya mu bantu." }, { "english": "Begging for things such as fees and jobs around their shared problems.", "luganda": "Basabiriza ebintu gamba nga ssente n'emirimu nga beetooloolera ku bizibu bye bafaanaganya." }, { "english": "That is why we are seeing a contest over the “spoils of office”.", "luganda": "Eyo ye nsonga lwaki tuwulira abantu nga balumiriza abalala nti bakozesa bubi ofiisi zaabwe." }, { "english": "That allows them to capture the masses.", "luganda": "Ekyo kibasobozesa okuleetera abantu okubassaako ebirowoozo." }, { "english": "No part of the country will be spared.", "luganda": "Tewali kitundu kya ggwanga kijja kulekebwa." }, { "english": "They also opened fire on civilians.", "luganda": "Era baakuba amasasi mu bantu ba bulijjo." }, { "english": "They were unarmed and peacefully moving with their cows.", "luganda": "Tebaalina bya kulwanyisa era baali batambula mu mirembe nga bali n'ente zaabwe." }, { "english": "There is a political crisis in the country that needs to be resolved.", "luganda": "Waliwo obuzibu mu by'obufuzi mu ggwanga obwetaaga okugonjoolwa." }, { "english": "It has soiled our freedom and we need to pick it up.", "luganda": "Kimazeewo eddembe lyaffe era tulina okulirwanirira." }, { "english": "Hopefully before it is too late.", "luganda": "Oboolyawo ng'ekiseera tekinnatuyitako." }, { "english": "Imagine three ministers going to parliament to issue three statements about the same subject?", "luganda": "Lowooza ku ky'okuba nti baminisita basatu bagenda mu paalamenti okukola sitetimenti ssatu ku nsonga y'emu?" }, { "english": "With those changes policy and legislative levels were put in place.", "luganda": "Olw'enkyukakyuka ezo emitendera gy'amateeka gyassibwawo." }, { "english": "The government made it mandatory for owners of public buildings to have metal detectors.", "luganda": "Gavumenti yalagira nti buli alina ekizimbe ekya lukale alina okuba n'obuuma obukebera." }, { "english": "This paved the way for the government to legally monitor their communication.", "luganda": "Ekyo kyawa gavumenti ekyanya mu butongole okulondoola empuliziganya yaabwe." }, { "english": "Metal detectors are now everywhere in the city and are not subject to taxes.", "luganda": "Obuuma obukebera buli buli wamu mu kibuga era tebuggibwako musolo." }, { "english": "This problem is a recurring theme in government.", "luganda": "Ekizibu ekyo kiremedde mu gavumenti." }, { "english": "Most of the Local Councils are suffering from a crisis of confidence.", "luganda": "Ba LC abasinga balina obuzibu bw'obuteekakasa." }, { "english": "How will these changes at the national and local levels be used in fighting terrorism?", "luganda": "Enkyukakyuka zino ezikoleddwa ku mutendera gw'eggwana ne ku mutendera gw'ebyalo zinaayamba zitya mu kulwanyisa obutujju?" }, { "english": "All possible measures are being done at the government level.", "luganda": "Gavumenti ekola kyonna ekisoboka." }, { "english": "Popular attention is the perfect weapon against terror.", "luganda": "Abantu bonna okuba obulindaala kyakulwanyisa kya maanyi ekisobola okumalawo obutujju." }, { "english": "This way communities can identify illegal settlers and suspected criminals.", "luganda": "Mu ngeri eyo abantu basobola okumanya abo abajja mu kitundu mu ngeri emenya amateeka oba okumanya abo abayinza okuba abamenyi b'amateeka." }, { "english": "The answer lies in popular care until we can use cameras and trackers.", "luganda": "Eddagala liri mu bantu bonna kuba bulindaala okutuusa lwe tunaafuna kamera n'ebyuma ebirondoola." }, { "english": "Local Councils’ role in the community is policing back on the agenda", "luganda": "Obuvunaanyizibwa bwa LC buzzeemu okwekeneenyezebwa." }, { "english": "The launch was supposed to be a milestone.", "luganda": "Okutongozebwa kwalina kuba kwa byafaayo." }, { "english": "The leader of the forum had to be elected by the people.", "luganda": "Omukulembeze w'akakiiko yalina kulondebwa bantu." }, { "english": "The forum is supposed to determine the relationships of political parties.", "luganda": "Akakiiko kalina okumanya enkolagana eriwo wakati w'ebibiina by'obufuzi." }, { "english": "Many questioned if there was value for parties in the opposition.", "luganda": "Bangi baali babuusabuusa obanga ddala ebibiina ebivuganya birimu omugaso." }, { "english": "Political parties have endured the problems the forum intended to stop.", "luganda": "Ebibiina by'obufuzi bigumidde ebizibu akakiiko bye kaali kaagala okukomya." }, { "english": "The opposition has witnessed cruel abuse from the State.", "luganda": "Gavumenti etulugunyizza nnyo ab'oludda oluvuganya." }, { "english": "Opposition party officials are denied time on state-owned media.", "luganda": "Abakungu b'ebibiina ebivuganya gavumenti tebakkirizibwa kwogerera ku mikutu gya gavumenti egy'empuliziganya." }, { "english": "They believe it is incomplete and supports the ruling party.", "luganda": "Balowooza nti kubulako era nti kiwagira kibiina ekiri mu buyinza." }, { "english": "There is a need to regulate political parties' status in the country legally.", "luganda": "Waliwo obwetaavu bw'okussaawo etteeka erikoma ku bibiina by'obufuzi mu ggwanga." }, { "english": "Maybe after the elections we shall be able to see some changes.", "luganda": "Oboolyawo oluvannyuma lw'okulonda tujja kusobola okulabawo enkyukakyuka." }, { "english": "The party supposed to lead the forum adopts challenging positions.", "luganda": "Ekibiina ekirina okukulembera akakiiko kikwata ku nsonga ezisoomooza." }, { "english": "The majority will have a chance to have their views represented.", "luganda": "Abasinga obungi bajja kufuna akakisa ak'okuba nti ebirowoozo byabwe bikiikirirwa." }, { "english": "Unfortunately the leader was absent.", "luganda": "Eby'embi omukulembeze teyabaddewo." }, { "english": "They consulted their lawyers and the public.", "luganda": "Beebuuza ku bannamateeka baabwe ne ku bantu." }, { "english": "The invitation was sent a long time ago but had never been honored.", "luganda": "Ekiwandiiko ekibayita kyaweerezebwa dda naye baagaana." }, { "english": "Government should address the wrongs around elections.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okutereeza ensobi ezibaawo mu kulonda." }, { "english": "It would have to be a crisis.", "luganda": "Embeera esaanidde kuba nga mbi nnyo." }, { "english": "Owners of public buildings should conduct body and car searches.", "luganda": "Bannanyini bizimbe ebya lukale basaanidde okukebera abantu n'emmotoka." }, { "english": "The use of the Regulation of blocking is yet to be applied.", "luganda": "Enkola ey'okukozesa emiziziko tennatandika kukozesebwa." }, { "english": "These policing roles include registering Local Council village residents.", "luganda": "Enkola zino ez'okwerinda zizingiramu okuwandiisa abatuuze b'oku byalo." }, { "english": "Local Councils and the communities must take the lead in policing.", "luganda": "Aba LC n'abatuuze basaanidde okuwoma omutwe mu by'okwerinda." }, { "english": "Police denied them the right to demonstrate freely.", "luganda": "Poliisi yabalemesezza okwekalakaasa mu mirembe." }, { "english": "He opened political space for their participation.", "luganda": "Yawa abantu baabwe ekyanya mu kisaawe ky'eby'obufuzi." }, { "english": "The forum will address issues affecting the political parties.", "luganda": "Akakiiko kajja kwogera ku nsonga eziruma ebibiina by'obufuzi." }, { "english": "They called journalists to escort them to meet control leaders.", "luganda": "Baayita bannamawulire okubawerekerako nga bagenda okusisinkana abakulembeze." }, { "english": "He has changed his mind about it.", "luganda": "Yakyusa endowooza gye yakirinako." }, { "english": "There was no clear reason for this.", "luganda": "Tewaaliwo nsonga nnambulukufu ku ekyo." }, { "english": "He called these people impostors.", "luganda": "Abantu abo yabayita bannanfuusi." }, { "english": "That accusation sounds weird.", "luganda": "Ekyo kye yabalumiriza kyewuunyisa." }, { "english": "The parties are paying the price for their oversight on critical issues.", "luganda": "Ebibiina by'obufuzi bisasulira eky'okulabirira ensonga enkulu." }, { "english": "The meeting did not yield much.", "luganda": "Tewali kya maanyi kyava mu lukungaana." }, { "english": "With hands above their heads the new party’s executives marched.", "luganda": "Ng'emikono gibali waggulu abakulembeze b'ekibiina ekipya baatambula bwe bakumba." }, { "english": "The occasion was the formal start of the new party.", "luganda": "Omukolo ogwo gwe gwatongoza ekibiina ekopya." }, { "english": "Nobody should put down our commitment to democracy.", "luganda": "Tewali asaanidde kutulemesa kulwanirira dimokulase." }, { "english": "If anybody imposes dictatorship they will fight him.", "luganda": "Omuntu yenna aleeta obwannakyemalira bajja kumulwanyisa." }, { "english": "Provoking people will release their unseen energy.", "luganda": "Okusoomooza abantu kijja kubaleetera okwoleka amaanyi gaabwe ge basirikidde." }, { "english": "Communities must demolish any barrier against democracy.", "luganda": "Abantu basaanidde okuggyawo ekintu kyonna ekiremesa dimokulasiya okubaawo." }, { "english": "If anyone gives us a chance to fight a just war that shall be up to him.", "luganda": "Singa omuntu yenna atuwa akakisa okulwana olutalo mu bwenkanya kijja kuba eri ye." }, { "english": "He warned against the quick branding of individuals as enemies.", "luganda": "Yalabula ku ky'okwanguyiriza okutwala abantu ng'abalabe." }, { "english": "He said the solution to the first two categories is criticism.", "luganda": "Yagamba nti eddagala ly'ebiti ebibiri ebisoose kwe kuvumirira." }, { "english": "Wrong people have to be exposed to avoid contaminating others.", "luganda": "Abantu abakyamu balina okwanikibwa baleme kwonoona balala." }, { "english": "The party should set up a code of conduct.", "luganda": "Ekibiina kirina okusaawo omutindo gw'empisa." }, { "english": "There is no serious case for wide-scale politics.", "luganda": "Tekirina buzibu singa abantu bangi beenyigira mu by'obufuzi." }, { "english": "It offers the poor chance to improve their wellbeing.", "luganda": "Kiwa abaavu akakisa okulongoosa mu mbeera yaabwe ey'obulamu." }, { "english": "A business person is also a manufacturer.", "luganda": "Munnabizineesi era aba mukozi wa bintu." }, { "english": "Free competition is a powerful force.", "luganda": "Okuvuganya kukulu nnyo." }, { "english": "The meeting aimed to resolve all outstanding problems.", "luganda": "Olukungaana lwali lugendereddwa kugonjoola bizibu byonna ebyali bikyasigalidde." }, { "english": "The meeting had found no merit in the accusations.", "luganda": "Abaali mu lukungaana baalaba nti ebyali birumirizibwa tebyalimu ggumba." }, { "english": "The cooperating parties need to take disagreements as lessons.", "luganda": "Ebibiina ebikolera awamu bisaanidde okuyigira ku butakkiriziganya obwo." }, { "english": "The power of state privileges can make such disagreements worse.", "luganda": "Enkizo eziri mu kuba mu buyinza zisobola okwongera okuleetawo obutakkaanya ." }, { "english": "He pulled much bigger crowds whenever he went.", "luganda": "Yonna yonna gye yagendanga abantu baakungaananga mu bungi." }, { "english": "There is nothing wrong with it.", "luganda": "Tekirina buzibu." }, { "english": "Much of the work that had to be done was done.", "luganda": "Omulimu ogusinga obunene ogwalina okukolebwa gwakolebwa." }, { "english": "This time it's their turn to lead the union.", "luganda": "Kati kakisa kaabwe okukulembera omukago." }, { "english": "Both parties put up candidates for this election.", "luganda": "Ebibiina byombi birina gwe byasimbawo mu kulonda kuno." }, { "english": "No one should mistake our commitment.", "luganda": "Tewali n'omu asaanidde kubuusabuusa bumalirivu bwaffe." }, { "english": "The enemies have to be fought even with bullets.", "luganda": "Abalabe balina okulwanyisibwa ne bwe kiba kyetaagisa kukozesa masasi." }, { "english": "Individuals were clear and eligible to hold posts within the party.", "luganda": "Abantu baali basobola era nga batuukiriza ebisaanyizo okufuna ebifo mu kibiina." }, { "english": "Let no one confuse you about this.", "luganda": "Tewali asaanidde kukubuzaabuza ku nsonga eno." }, { "english": "What might happen if they win and come to power?", "luganda": "Kiki ekiyinza okubaawo singa bawangula ne bajja mu buyinza?" }, { "english": "They are still on the opposition side.", "luganda": "Bakyali ku ludda oluvuganya gavumenti." }, { "english": "He is already sitting down.", "luganda": "Yamaze dda okutuula." }, { "english": "The thug has ordered a very cheap wine.", "luganda": "Omubbi alagirizza omwenge ogw'ebbeeyi entono ennyo." }, { "english": "The man has not even ordered for reservation of that table.", "luganda": "Omusajja tannagambako kumukwatira mmeeza eyo." }, { "english": "He is fidgeting with his phone making those comedian calls.", "luganda": "Yeefulukuta n'essimu ye nga yeefuula ng'akuba essimu." }, { "english": "You know what I am talking about.", "luganda": "Omanyi kye njogerako." }, { "english": "He whispers loudly pretending so that you can hear.", "luganda": "Akuba akaama mu ddoboozi eriwulikika osobole okumuwulira." }, { "english": "He talks too much.", "luganda": "Ayogera nnyo." }, { "english": "These types of men are irritating.", "luganda": "Abasajja ng'abo banyiiza." }, { "english": "Someone please tell me what this is?", "luganda": "Bannange mbuuza kiki kino?" }, { "english": "I was overwhelmed by his rudeness.", "luganda": "Nneewuunyizza engeri gye yazzeemu obubi." }, { "english": "The man is wondering where I have gone.", "luganda": "Omusajja yeebuuza wa gye ngenze." }, { "english": "He is so stupid to think that I can talk to him again.", "luganda": "Musiru nnyo okulowooza nti nsobola okuddamu okwogera naye." }, { "english": "I have no regret leaving without having dinner.", "luganda": "Sejjusa kugenda nga sinnalya mmere." }, { "english": "He took a burden off my shoulders.", "luganda": "Yantikudde omugugu." }, { "english": "Joy and happiness are all I need.", "luganda": "Kye nneetaaga kyokka kwe kufuna essanyu." }, { "english": "It is a world of reality not a little world created by this joker.", "luganda": "Nsi ya ddala so si nsi entono eteekeddwawo omusajja oyo ali mu muzannyo." }, { "english": "Grandma said “ a man’s strength in his character.”", "luganda": "Jjajja omukazi yagamba nti “ amaanyi g'omusajja gali mu mbeera ze.”" }, { "english": "Observers had doubts about a picture speaking a thousand words.", "luganda": "Abatunuulizi baali babuusabuusa nti ekifaananyi kisobola okubaamu obubaka bungi nnyo." }, { "english": "Women show their anger about violence against them.", "luganda": "Abakazi booleka obusungu olw'ebikolwa eby'obukambwe ebibakolwako." }, { "english": "The pictures show the pain women go through during armed conflicts.", "luganda": "Ebifaananyi biraga obulumi abakazi bwe bayitamu mu biseera by'entalo." }, { "english": "The message is to stop violence against women and girls.", "luganda": "Obubaka obulimu bwa kukomya bikolwa bya bukambwe ebikolebwa ku bakazi n'abawala." }, { "english": "The thirty images composed the five sections of the exhibition.", "luganda": "Ebifaananyi ebyo amakumi asatu bye byali mu mwoleso ogwalimu ebitundu bitaano." }, { "english": "It displayed the strategies developed to tackle this issue.", "luganda": "Byalaga enteekateeka ezikoleddwa okugonjoola ekizibu ekyo." }, { "english": "Are you indifferent about violence against women?", "luganda": "Tofaayo ku bikolwa eby'obukambwe ebikolebwa ku bakazi?" }, { "english": "Millions of women experience violence in their homes.", "luganda": "Abakazi bangi nnyo bakolebwako ebikolwa eby'obukambwe mu maka gaabwe." }, { "english": "Violence against women and girls takes different forms.", "luganda": "Ebikolwa eby'obukambwe ebikolebwa ku bakazi n'abawala bya njawulo." }, { "english": "It affects women in all stages of their lives.", "luganda": "Bikosa abakazi ka babe ba myaka emeka." }, { "english": "Over two hundred thousand women have suffered from sexual violence.", "luganda": "Abakazi abasukka mu mitwalo abiri bakabasanyiziddwa." }, { "english": "They used the art of photography to communicate this mess.", "luganda": "Baakozesa ebifaananyi okumanyisa obubaka buno." }, { "english": "The exhibition attacks violence against women.", "luganda": "Omwoleso ogwo gwali guvumirira ebikolwa eby'obukambwe ebikolebwa ku bakazi." }, { "english": "Violence happens in homes schools workplaces and communities.", "luganda": "Ebikolwa eby'obukambwe bikolebwa mu maka ku ssomero ku mirimu ne mu bitundu abantu mwe babeera." }, { "english": "Windshield wiper blades are essential driving safety components.", "luganda": "Wayipa nkulu nnyo ku mmotoka." }, { "english": "The windshield wipers have a sponge.", "luganda": "Wayipa zibaako sipongi." }, { "english": "Some wiper blades do poor wiping when put to the test.", "luganda": "Wayipa ezimu tezikola bulungi mu mbeera y'obudde embi ennyo." }, { "english": "Others need replacement because they wear and tear.", "luganda": "Ezimu ziba zeetaaga kukyusa olw'okuba ziba ziggweredde." }, { "english": "If the windshield wipers are failing to wipe replace them.", "luganda": "Wayipa bwe ziba tezisiimuula bulungi zikyuse." }, { "english": "You should replace them every six months for optimum performance.", "luganda": "Osaanidde okuzikyusa buli luvannyuma lwa myezi mukaaga bw'oba oyagala zisigale nga zikole bulungi." }, { "english": "If unchanged all windshield wiper blade materials will die of climate factors.", "luganda": "Bw'otozikyusa zonna zifa olw'embeera y'obudde." }, { "english": "Exposure to sunlight and atmospheric pollution causes the rubber to age.", "luganda": "Akasana n'ebikka ebiri mu mpewo bigwereza labba ya wayipa." }, { "english": "As windshield wiper blades age they lose much of their flexibility.", "luganda": "Wayipa bwe zigenda zikaddiwa zirekera awo okukola obulungi." }, { "english": "They may develop a permanent roughness.", "luganda": "Zisobola okutandika okukulubula endabirwamu." }, { "english": "This happens a lot on vehicles that are parked outside in the hot sun all day.", "luganda": "Ekyo kye kitera okutuuka ku mmotoka ezisimbibwa mu kasana akaaka ennyo olunaku lwonna." }, { "english": "The sun bakes and hardens the rubber.", "luganda": "Akasana kafumba labba n'ekaluba." }, { "english": "Heavy use can be hard on wiper blades.", "luganda": "Wayipa bwe zikozesebwa ennyo era zigwerera mangu." }, { "english": "As the blade loses its edge water gets under it and remains on the glass.", "luganda": "Labba bw'eggwerera etandika okuleka amazzi ku ndabirwamu." }, { "english": "The result is reduced visibility and poor wiping action.", "luganda": "N'ekivaamu omuvuzi w'emmotoka aba takyalaba bulungi kubanga endabirwamu eba tesiimuulwa bulungi." }, { "english": "Any blade that’s doing a poor job of wiping needs to be replaced.", "luganda": "Labba bw'eba tesiimuula bulungi eba yeetaaga kukyusa." }, { "english": "Any blade that is damaged should be replaced.", "luganda": "Labba bw'efuna akamogo eba yeetaaga kukyusa." }, { "english": "A simple check is to try the windshield washers on a dry day.", "luganda": "Osobola okugezesa wayipa ng'ogisiimuuza ku ndabirwamu ng'enkuba tetonnya." }, { "english": "Check the windshield washer system too.", "luganda": "Kebera wayipa z'emmotoka n'akafuuwa amazzi." }, { "english": "Do both people work together?", "luganda": "Bombi bakolera wamu?" }, { "english": "Check that the spray hits the windshield where it’s supposed to.", "luganda": "Laba obanga amazzi gatuuka we galina okutuuka ku ndabirwamu." }, { "english": "The editor would be interested in getting some comments.", "luganda": "Omuwandiisi ajja kwagala okufunayo ku birowoozo." }, { "english": "The law also criminalizes the act of printing and distributing rebellious content.", "luganda": "Era kimenya mateeka singa omuntu akuba mu kyapa era n'abunyisa ebintu ebikubiriza obujeemu." }, { "english": "This strike has elevated negotiations to a higher level.", "luganda": "Akeediimo kano katutte enteeseganya ku ddaala eddala." }, { "english": "Guns alone cannot fight terrorism.", "luganda": "Emmundu ku bwazo tezisobola kulwanyisa bikolwa bya butujju." }, { "english": "In which country was that wine manufactured?", "luganda": "Envinnyo eyo baagikolera mu nsi ki?" }, { "english": "Their doubts are reduced by the powerful pictures that show clear messages.", "luganda": "Okubuusabuusa kwe baalina kwakendeera oluvannyuma lw'okulaba ebifaananyi ebyali bitegeerekeka obulungi ebyalimu obubaka obw'amaanyi." }, { "english": "Women are mistreated during armed conflicts in their communities.", "luganda": "Abakazi batulugunyizibwa nga waliwo entalo mu bitundu mwe babeera." }, { "english": "An average of thirty-six women and girls are raped every day.", "luganda": "Abakazi n'abawala nga asatu mu mukaaga bakakibwa omukwano buli lunaku." }, { "english": "Violence or fear of violence may prevent women from negotiating safe sex.", "luganda": "Ebikolwa eby'obukambwe oba okutya okutuusibwako ebikolwa eby'obukambwe kisobola okulemesa abakazi okusaba okwegatta mu ngeri etassa bulamu bwabwe mu kabi." }, { "english": "It makes good visibility essential especially during wet weather.", "luganda": "Kisobozesa omuvuzi w'emmotoka okulaba obulungi nnaddala ng'enkuba ettonnya." }, { "english": "The rubber blade pulls the droplets of water away from the driver’s field of vision.", "luganda": "Labba eri ku wayipa eggya amatondo g'amazzi ku ndabirwamu omuvuzi n'asobola okulaba obulung." }, { "english": "If not a nozzle may be plugged with dirt.", "luganda": "Bwe kitaba kityo enfuufu eyinza okuba ng'ewagamidde mu kafuuwa amazzi." }, { "english": "The law includes a penalty of five years in jail.", "luganda": "Etteeka lirimu ekibonerezo eky'okusibwa emyaka etaano mu kkomera." }, { "english": "Over one thousand four hundred households were grouped in crowded tents.", "luganda": "Ab'omu maka agasukka mu lukumi mu bina beenyigirizza mu weema." }, { "english": "As the registrar reached the judgment of the five judges tension mounted.", "luganda": "Munnamateeka bwe yatuuse ku kusalawo kw'abalamuzi abataano abantu emitima gy'abeewanise." }, { "english": "It became clear that the court had ruled in favor of the petitioners.", "luganda": "Kyamanyibwa nti abaawawaabira baali bawangudde omusango." }, { "english": "They popped Champagne at the Daily Monitor and the celebration started.", "luganda": "Baasumulula omwenge nga bajaguliza ku ofiisi z'olupapula lwa Daily Monitor." }, { "english": "He made history today by winning a gold medal.", "luganda": "Akoze ekyafaayo leero bw'awangudde omudaali gwa zaabu." }, { "english": "For five years the men waited to have their case heard.", "luganda": "Okumala emyaka etaano abasajja abo babadde balindirira omusango gwabwe okuwulirwa." }, { "english": "No statement of the summary of the two petitions had been prepared", "luganda": "Tewali sitetimenti ku kusaba okwo okw'emirundi ebiri yali etegekeddwa." }, { "english": "I ask them to give me a room so I can work from there.", "luganda": "Nnabasaba bampe ekisenge mwe mba nkolera." }, { "english": "The arrests are designed primarily to intimidate.", "luganda": "Okusingira ddala bakwata abantu okubaleetera okutya." }, { "english": "But it can disrupt an individual’s work.", "luganda": "Naye kitaataaganya emirimu gy'abantu." }, { "english": "People don’t want to associate because they fear getting into trouble.", "luganda": "Abantu tebaagala kukungaana wamu kubanga batya okugwa mu buzibu." }, { "english": "How far will the sedition ruling go to restore confidence among journalists?", "luganda": "Okusalawo kwa kkooti okukwata ku kukuma omuliro mu bantu kunaakola kyenkana wa ku kuzzaawo obwesige mu bannamawulire?" }, { "english": "The platform is now free for use without fear for those managing it.", "luganda": "Kati abantu basobola okukozesa pulatifoomu eyo ng'abagiddukanya tebalina kibatiisa." }, { "english": "But the sedition saga is still not quite over.", "luganda": "Naye ebikwata ku kukuma omuliro mu bantu tebinnaggwa." }, { "english": "If anything touches media they complain.", "luganda": "Ekintu kyonna bwe kikosa bannamawulire beemulugunya." }, { "english": "Journalists believe they can say anything.", "luganda": "Bannamawulire balowooza nti basobola okwogera ekintu kyonna." }, { "english": "Can the media criticize the President?", "luganda": "Bannamawulire basobola okuvumirira pulezidenti?" }, { "english": "The judges allocated two sentences for their justification.", "luganda": "Abalamuzi baakozesa sentensi bbiri mu kwewozaako." }, { "english": "We decline to grant the declaration on the bias as prayed.", "luganda": "Tugaanye okuwa okusalawo kwaffe ku kyekubiira nga bwe kyasabibwa." }, { "english": "They went ahead and appealed.", "luganda": "Baagenda mu maaso ne bajulira." }, { "english": "The sedition charge was the bigger of the two.", "luganda": "Ku misango ebiri ogw'okukuma omuliro mu bantu gwe gusinga obunene." }, { "english": "For any publication to be licensed it needs to show cultural and economic values.", "luganda": "Ekitabo kyonna okusobola okuweebwa layisinsi kiba kirina okutuukiriza ebisaanyizo by'obuwangwa n'eby'enfuna." }, { "english": "The Bill provides the minister with the power to appoint members of the Council.", "luganda": "Etteeka liwa minisita obuyinza okulonda ab'okuba ku lukiiko." }, { "english": "The proposals have raised the anger of many journalists.", "luganda": "Ebiteeso ebyo byanyiizizza bannamawulire bangi." }, { "english": "If the law is passed it will still be challenged in court.", "luganda": "Singa etteeka eryo liyisibwa lijja kuwakanyizibwa mu kkooti." }, { "english": "We hope that this will be the end of the story.", "luganda": "Tusuubira nti ebintu bijja kukoma awo." }, { "english": "If you want something it is better to ask for so many.", "luganda": "Bw'oba olina ky'oyagala kiba kirungi okukisaba mu bungi." }, { "english": "There are a few things in there that the government wants.", "luganda": "Mulimu ebintu bitono gavumenti by'eyagala." }, { "english": "Members of Parliament will consult their constituencies to address concerns.", "luganda": "Ababaka ba paliyamenti bajja kwebuuza ku bantu mu bitundu bye bakiikirira okusobola okukola ku bizibu by'abantu." }, { "english": "My experience in jail was wonderful.", "luganda": "Nnanyumirwa nnyo obulamu bw'ekkomera." }, { "english": "He dismissed the question initially.", "luganda": "Yasooka n'agoberawo ekibuuzo ekyo." }, { "english": "The office was now overflowing with reporters.", "luganda": "Bannamawulire baali beeyiwa ku ofiisi." }, { "english": "His live radio and was drawing a million listeners daily.", "luganda": "Omukutu gwe ogwa leediyo gwali guwulirizibwa abantu bukadde na bukadde buli lunaku." }, { "english": "After the verdict the man wanted him to come and close the Daily Monitor.", "luganda": "Oluvannyuma lw'omusango okusalibwa omusajja yali ayagala ajje aggalewo olupapula lwa Daily Monitor." }, { "english": "They paid thirty-three bail extensions before they were acquitted.", "luganda": "Baasasula ssente ku kakalu ka kkooti emirundi asatu mu esatu nga tebannaba kwejeerezebwa." }, { "english": "All prosecutions involving that law must have stayed indefinitely.", "luganda": "Byonna ebyali biwawaabiddwa ebikwata ku tteeka eryo biteekwa okuba nga byasigalawo." }, { "english": "Five years in jail and a fifty thousand shillings fine for first-time offenders", "luganda": "Abantu ababa baakazza omusango omulundi ogusooka basibibwa mu kkomera emyaka etaano nga kw'otadde n'okuwa engassi ya mitwalo etaano." }, { "english": "This often took hours at a time before releasing them.", "luganda": "Kino kyateranga okutwala essaawa eziwerako nga tannateebwa." }, { "english": "This is out of concern of the continued threats and arrests of journalists", "luganda": "Kino kikoleddwa olw'obweraliikirivu obuliwo olwa bannamawulire abeeyongedde okutiisibwatiisibwa n'okukwatibwa." }, { "english": "That was moments after the registrar read out the outcome.", "luganda": "Ekyo kyaliwo nga wayise akaseera katono oluvannyuma lwa munnamateeka okusoma ebyali bivudde mu musango." }, { "english": "This charge can be applied to anyone suspected of raising discontent.", "luganda": "Omusango ogwo gusobola okussibwa ku muntu yenna eyeemulugunya." }, { "english": "That is a voluntary network of organizations working to promote media freedom.", "luganda": "Ebyo bibiina bya bannakyewa ebifuba okulwanirira eddembe lya bannamawulire." }, { "english": "It has met other stakeholders including media experts from Ghana.", "luganda": "Kisisinkanye abantu abatali bamu nga mw'otwalidde n'abakugu mu by'amawulire mu Ghana." }, { "english": "The media should keep the focus on content that is of public interest.", "luganda": "Bannamawulire basaanidde okussa essira ku bintu abantu bye basinga okwagala." }, { "english": "That was a sign that he believes there should be a democracy.", "luganda": "Ako kaali kabonero akalaga nti akkiriza nti wasaanidde okubaawo demokulasiya." }, { "english": "That was enough to take him to jail for a week.", "luganda": "Ekyo kyali kimala okumusiba mu kkomera okumala wiiki emu." }, { "english": "He was arrested.", "luganda": "Yakwatibwa." }, { "english": "Prisoners are denied newspapers and are allowed to keep one shirt.", "luganda": "Abasibe tebakkirizibwa kusoma mawulire era babakkiriza kuba na ssaati emu yokka." }, { "english": "Cells are small toilets don’t work and they sleep on the ground.", "luganda": "Obuduukulu bufunda kaabuyonjo tezikola era beebaka wansi." }, { "english": "He recalls that it was the first real shock for him.", "luganda": "Agamba nti ekyo kye kyasooka okumukuba enkyukwe nga yaakatuukayo." }, { "english": "I had to avoid looking at other men naked.", "luganda": "Nnalina okwewala okutunuulira abasajja abalala nga bali bukunya." }, { "english": "He appealed to the Supreme Court to be given bail.", "luganda": "Yajulira mu kkooti ensukkulumu ateebwe ku kakalu ka kkooti." }, { "english": "He was against the government.", "luganda": "Yali awoza na gavumenti." }, { "english": "He spread the same message to other vendors.", "luganda": "Yategeezaako n'abatembeyi abalala ku nsonga eyo." }, { "english": "He says they have never discussed the party budget.", "luganda": "Agamba nti teboogerangako ku bajeti ya kibiina." }, { "english": "The budget passed for this year is six billion shillings.", "luganda": "Bajeti y'omwaka guno eyayisibwa ya buwumbi mukaaga." }, { "english": "All budgets cater for administration and campaigns for the next elections.", "luganda": "Bajeti zonna zikwata ku nzirukanya y'emirimu ne ku kampeyini ez'okulonda okuddako." }, { "english": "It does not run any business that generates revenue for the party.", "luganda": "Tekirina bizineesi yonna gye kiddukanya kuvaamu ssente za kibiina." }, { "english": "They amended the political parties act to provide for government funding.", "luganda": "Baakola ennongoosereza mu ssemateeka w'ebibiina by'obufuzi kibisobozese okufuna ku ssente za gavumenti." }, { "english": "Where does it get money to finance its programs?", "luganda": "Kiggya wa ssente okuddukanya emirimu gyakyo?" }, { "english": "Some party officials inject personal money.", "luganda": "Abamu ku bakungu b'ebibiina bassaamu ssente zaabwe." }, { "english": "Some programs require huge amounts of resources.", "luganda": "Emirimu egimu gyetaagisa ssente nnyingi nnyo." }, { "english": "This translates into twenty-one million two hundred thousand shillings a month.", "luganda": "Obwo buba obukadde abiri mu kamu mu emitwalo abiri buli mwezi." }, { "english": "This amount is like a drop in the ocean.", "luganda": "Ssente ezo ntono nnyo ku zeetaagibwa." }, { "english": "Each delegate received one hundred fifty thousand shillings.", "luganda": "Buli mukiise yaweebwa emitwalo kkumi n'etaano." }, { "english": "Where did the money come from?", "luganda": "Ssente ezo zaava wa?" }, { "english": "They use the national budgetary allocations to their government offices to subsidize party work.", "luganda": "Baddira ezimu ku ssente z'eggwanga ezibaweebwa okukola emirimu gya gavumenti ne bazikozesa mu mirimu gy'ebibiina byabwe eby'obufuzi." }, { "english": "The money is gathered from the classified budget votes.", "luganda": "Ssente zifunibwa okuva mu biti bajeti mw'egwa." }, { "english": "Money from the government in salaries and allowances is given to party teams.", "luganda": "Ssente z'emisaala okuva mu gavumenti ziweebwa ttiimu z'ebibiina." }, { "english": "He said that he is thirty-three years old.", "luganda": "Yagamba nti wa myaka asatu mu esatu." }, { "english": "He is rewarded and facilitated by the State like a minister.", "luganda": "Gavumenti emuwa akasiimo n'ebintu ebirala nga bw'ewa minisita." }, { "english": "The biggest problems we have are finances and organization.", "luganda": "Ebizibu ebisinga obunene bye tulina bya ssente na kubulwa ntegeka." }, { "english": "Many organizations don’t have money.", "luganda": "Ebibiina bingi tebirina ssente." }, { "english": "He says without elaborating that in our case we are not organized.", "luganda": "Yagamba awatali kulambulula nti obuzibu bwe tulina buli nti tetulina ntegeka." }, { "english": "Local business people politicians and business entities fund the party.", "luganda": "Bannabizineesi aba kuno bannabyabufuzi n'ebitongole ebitali bimu bye biwa ebibiina ssente." }, { "english": "This raises more questions than answers.", "luganda": "Kino kireetawo ebibuuzo ebirala bingi." }, { "english": "If the party has financiers why does it have an annual budget?", "luganda": "Bwe kiba nti ekibiina kirina abakissaamu ssente lwaki kiba ne bajeti eya buli mwaka?" }, { "english": "However he did not name the law.", "luganda": "Naye teyalaga tteeka ki eryo." }, { "english": "Section nine of the political parties and Organizations’ Act requires political parties to declare their assets and liabilities.", "luganda": "Akawaayiro ak'omwenda mu ssemateeka afuga ebibiina by'obufuzi yeetaagisa ebibiina okulaga ennyingiza n'enfulumya yaabyo." }, { "english": "Parties have business subsidiaries that generate revenue.", "luganda": "Ebibiina birina bizineesi ezigattiriza ku ssente zaabyo." }, { "english": "They are either cabinet ministers or hold other big government jobs.", "luganda": "Bayinza okuba nga baminisita abali ku kabineeti oba nga balina ebifo ebirala ebinene mu gavumenti." }, { "english": "They have strong business relationships with the government.", "luganda": "Balina enkolagana ya maanyi ne gavumenti mu bya bizineesi." }, { "english": "That is how they manage to survive.", "luganda": "Bwe batyo bwe basobola okumalako." }, { "english": "Unity is all that we need.", "luganda": "Kye twetaaga kwe kuba obumu." }, { "english": "Experts from friendly countries should be invited as advisers.", "luganda": "Abakugu mu mawanga agalina enkolagana ennungi naffe basaanidde okuyitibwa tubeebuuzeeko." }, { "english": "A group of the main opposition parties boycotted the electoral process.", "luganda": "Ekibinja ky'ekibiina ekivuganya gavumenti ekisinga obunene kyazize okulonda." }, { "english": "The opposition strategy was to weaken the elections through low voter turnout.", "luganda": "Ab'oluda oluvuganya baali baagala okunafuya eby'okulonda nga balemesa abantu okujja mu bungi okulonda." }, { "english": "They have failed to deliver a response to the regime.", "luganda": "Baalemererwa okufuna engeri y'okuwangulamu ekibiina ekiri mu buyinza." }, { "english": "Political analysts are concerned with the opposition's separation.", "luganda": "Abeekenneenya eby'obufuzi beeraliikirivu olw'enjawukana eziri mu b'oludda oluvuganya gavumenti." }, { "english": "International observers are the first to criticize strikes during an election.", "luganda": "Abatunuulizi okuva mu nsi z'ebweru be basoose okuvumirira obwegugungo mu biseera by'okulonda." }, { "english": "A strike may spoil the fairness of an electoral process.", "luganda": "Obwegugungo busobola okulemesa okulonda okuba okw'obw'enkanya." }, { "english": "Besigye sees the pointlessness of basing strategic moves on grievance without a fight.", "luganda": "Besigye alaba nti tekikola makulu kuvuganya gavumenti nga boogera bwogezi ku bintu by'etakola bulungi awatali kulwana." }, { "english": "He has experienced his fair share of direct scares and threats.", "luganda": "Ye kennyini amaze ebbanga ddene ng'atulugunyizibwa oba ng'atiisibwatiisibwa." }, { "english": "The opposition has at least some political support from discontented nations.", "luganda": "Ab'oluda oluvuganya balinayo ku buwagizi okuva mu mawanga agamu agatali mamativu." }, { "english": "A good number of his people have separated from him.", "luganda": "Abantu be abawerako bamuvuddeko." }, { "english": "Yesterday one of the prisoners escaped.", "luganda": "Olunaku lwa jjo omu ku basibe yatolose." }, { "english": "He promised to come back later.", "luganda": "Yasuubiza okukomawo oluvannyuma." }, { "english": "He does this for survival to avoid involving himself in any fight.", "luganda": "Ekyo akikola lwa kwetaasa eleme kwenyigira mu ntalo." }, { "english": "He warned Otti not to receive any documents from government agents.", "luganda": "Yalabula Otti aleme kukkiriza kiwandiiko kyonna kuva eri gavumenti." }, { "english": "Most soldiers were trained to be brave.", "luganda": "Abasirikale abasinga obungi baabatendeka kuba bavumu." }, { "english": "If you are not a strong-hearted commander you cannot move.", "luganda": "Omuduumizi bw'ataba muvumu tasobola kutambula." }, { "english": "The soldiers should not be accepted without question.", "luganda": "Abasirikale tebasaanidde kukkirizibwa awatali kubuuzibwa bibuuzo." }, { "english": "Many people refused to discuss politics.", "luganda": "Abantu bangi tebaagala kuwa ndowooza yaabwe ku bya bufuzi." }, { "english": "There were allegations of state torture against opposition members.", "luganda": "Kyagambibwa nti gavumenti etulugunya ab'oludda oluvuganya." }, { "english": "It discourages outside donor funding to support justice projects.", "luganda": "Kiremesa abagabi b'ensimbi okuva mu nsi z'ebweru okussa ssente mu nteekateeka ezirwanirira obwenkanya." }, { "english": "He vowed to kill a person daily and that he will remain in the base.", "luganda": "Yeerayirira okubaako omuntu gw'atta bulu lunaku era nti ajja kusigala mu nkambi." }, { "english": "They are hearing radio programs where the betrayers are participating.", "luganda": "Bawuliriza programu z'oku leediyo ezoogererwamu abo abaabaabulira." }, { "english": "They prevent the emergence of free discussion and debate.", "luganda": "Balemesa abantu okukubaganya ebirowoozo awatali kutya." }, { "english": "Journalists specialize in misquoting their interviewees and twisting stories.", "luganda": "Bannamawulire balina obumanyirivu bungi mu kunyoolanyoola ebigambo by'abantu be babuuza ebibuuzo n'okunyoolanyoola ebibaddewo." }, { "english": "How many people are simply playing safe?", "luganda": "Bantu bameka abeewala okwogera ebibali ku mutima olw'okwewala okugwa mu mitawaana?" }, { "english": "I listened to peasants accusing government officials including the police.", "luganda": "Nnawuliriza abantu ba bulijjo nga balumiriza abakungu ba gavumenti nga mw'otwalidde ne poliisi." }, { "english": "I have listened to women whose husbands are in prison on genocide charges.", "luganda": "Mpulirizza abakazi abalina abaami baabwe abaasibibwa mu kkomera nga babalanga gwa kwenyigira mu kitta bantu." }, { "english": "The post-genocide government built a system of local government.", "luganda": "Gavumenti eyaddawo oluvannyuma lw'ekitta bantu yateekawo enkola ya gavumeni z'ebitundu." }, { "english": "I have not yet attended any of these meetings.", "luganda": "Sigendangako wadde mu lumu ku nkungaana ezo." }, { "english": "Some researchers work from rural areas in the country.", "luganda": "Abanoonyereza abamu bakolera mu bitundu by'eggwanga eby'omu byalo." }, { "english": "He waits for thirty kilograms of posho from the Office of the Prime Minister.", "luganda": "Alindirira okuweebwa kiro z'akawunga amakumi asatu okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita." }, { "english": "I wish we could be relocated to a new area.", "luganda": "Nandyagadde tusengukire mu kitundu ekirala." }, { "english": "They are now presumed dead as well.", "luganda": "Kati nabo kiteeberezebwa nti baafa." }, { "english": "The camp constitutes one thousand four hundred households.", "luganda": "Enkambi erimu amaka lukumi mu bina." }, { "english": "The small tent is meant for an individual household.", "luganda": "Weema entono ya maka gamu." }, { "english": "All basic needs are not available in the camps.", "luganda": "Abantu mu nkambi tebalina byetaago bya bulamu byonna." }, { "english": "We need a place where we can grow crops.", "luganda": "Twetaaga ekifo aw'okulimira emmere." }, { "english": "He survived after his son heard him wailing and came to his rescue.", "luganda": "Yawonawo oluvannyuma lwa mutabani we okumuwulira ng'alaajana n'ajja n'amutaasa." }, { "english": "He can no longer walk without support and his right leg is broken.", "luganda": "Takyasobola kutambula nga tewali amuwaniridde era okugulu kwe okwa ddyo kwamenyeka." }, { "english": "Corruption has hindered the resettlement exercise.", "luganda": "Obulyi bw'enguzi bugootaanyizza enteekateeka z'okusengula abantu." }, { "english": "Fears tensions and anger are building up enhancing peace and quietness.", "luganda": "Okutya obunkenke n'obusungu byeyongedde mu bantu ekiyambye mu kuleetawo emirembe n'obukkakkamu." }, { "english": "They believe that they will rise one day.", "luganda": "Bakkiriza nti lumu bajja kusobola okuyimuka." }, { "english": "These women have protested their innocence and argued for their retrial.", "luganda": "Abakazi abo baawakanya eky'okubasingisa omusango era baasaba okuddamu okuwozesebwa." }, { "english": "This is on the condition that it is well researched and does not incite ethnic division.", "luganda": "Ekyo kikkirizibwa singa kinoonyerezebwako bulungi era ne kiba nga tekireetawo njawukana mu mawanga." }, { "english": "He challenged anyone with information to the contrary to produce it.", "luganda": "Yagamba nti omuntu yenna alina obujulizi obwawukana ku ekyo abuleete." }, { "english": "This shows a shallow understanding of the situation on the ground.", "luganda": "Ekyo kiraga nti bamanyi kitono ku bigenda mu maaso." }, { "english": "Media rights groups would do a lot for their reputations.", "luganda": "Ebibiina bya bannamawulire byandibadde bikola ekisingawo okulwanirira erinnya lyabwe." }, { "english": "They are determined to leave them and move on in a different direction.", "luganda": "Bamalirivu okubaleka bakole ebirala." }, { "english": "Ethnic discrimination and downgrading will no longer be accepted as usual.", "luganda": "Okusosola mu mawanga n'okufeebya abantu ab'eggwanga eddala tekijja kuddamu kutwalibwa ng'ekintu ekya bulijjo." }, { "english": "This will be central to its evolution towards becoming a normal country.", "luganda": "Ekyo kijja kuyamba nnyo mu kutereeza embeera mu ggwanga eryo." }, { "english": "Their classes have only one teacher for every four hundred students.", "luganda": "Mu masomero gaabwe buli musomesa omu asomesa abaana bina." }, { "english": "This is because he longer has the strength to work.", "luganda": "Ekyo kiri kityo kubanga takyalina maanyi gakola." }, { "english": "The displaced people would be resettled no later than May 2010.", "luganda": "Abantu ababundabunda bajja kufunirwa aw'okubeera obutasukka Maayi 2010." }, { "english": "Dealers in counterfeit goods will spend ten years in jail.", "luganda": "Abatunda ebintu ebijingirire bajja kusibibwa emyaka kkumi mu kkomera." }, { "english": "Researchers have found a way to make mouse hearts glow green each time they beat.", "luganda": "Abanoonyereza bazudde engeri y'okuleetera omutima gw'emmese okwaka langi eya kiragala buli lwe gukuba." }, { "english": "The operation was done by inserting a gene from a jellyfish’s ability to light.", "luganda": "Ekyo baakikola nga bagikubamu endagabutonde okuva mu kyennyanja kye bayita jellyfish ekirina obusobozi obw'okwaka." }, { "english": "Researchers can turn the glowing feature on and off at will.", "luganda": "Abanoonyereza basobola okuleetera omutima gwayo okwaka oba okulekera awo okwaka wonna we baba baagalidde." }, { "english": "But this is more than just a party trick.", "luganda": "Kino kye baliko si muzannyo." }, { "english": "The reason for having such a mouse is so that features of beating hearts can be studied.", "luganda": "Ensonga lwaki balina emmese ng'eyo eri nti baagala okwekenneenya ebikwata ku ngeri omutima gye gukubamu." }, { "english": "Calcium levels increase when heart cells contract and decrease when the cells relax.", "luganda": "Calcium yeeyongera omutima bwe gufunda okukuba omusaayi ate akendeera bwe gukkakkana." }, { "english": "Every time the heart beats all the cells in the heart sequentially release calcium.", "luganda": "Ku buli mulundi omutima bwe gukuba obutofaali bwonna obuli mu mutima buzaala calcium." }, { "english": "Changes in light are recorded through the use of a high-speed digital video camera.", "luganda": "Enkyukakyuka mu kitangaala ekwatibwa nga bakozesa kamera ennungi ekolera ku sipiidi eya waggulu." }, { "english": "Lighting hearts can be observed in adult mice.", "luganda": "Emitima egyaka gisobola okulabibwa mu mmese enkulu." }, { "english": "This mess has been created by a highly centralized system.", "luganda": "Akavuyo kano kazzeewo olw'okuba ebintu bingi nnyo bikolebwa gavumenti ya wakati." }, { "english": "Nobody should talk of independence.", "luganda": "Tewali n'omu asaanidde kwogera ku kyakwetwala yekka." }, { "english": "Bring facts show that they cheated and we shall repeat the elections if need be.", "luganda": "Muleete obukakafu mulage nti babba olwo nno okulonda kujja kuddibwamu bwe kiba kyetaagisa." }, { "english": "But we are not going to tolerate independents.", "luganda": "Naye tetujja kukkiriza bantu baagala kwetwala bokka." }, { "english": "You can’t be both.", "luganda": "Tosobola kuba byombi." }, { "english": "Either you are inside or outside.", "luganda": "Olina kuba munda oba wabweru." }, { "english": "If it is difficult to come to terms with my pace I will remove one of the tyres.", "luganda": "Bwe muba nga temusobola kutambulira wamu nange nja kukendeeza ku sipiidi." }, { "english": "We had a break with about four kilometers to the end.", "luganda": "Twawummulamu ng'ebula kiromita nga nnya tutuuke ku nkomerero." }, { "english": "I improved by fifteen seconds when I repeated the same section.", "luganda": "Nnasalako obutikitiki kkumi na butaano bwe nnaddamu ogw'okubiri." }, { "english": "He paraded a heap of dollars before the Ugandan media.", "luganda": "Yayolesa obuvangata bwa ssente za ddoola mu maaso ga bannamawulire Bannayuganda." }, { "english": "People are not the primary blood hosts for mosquitoes.", "luganda": "Ensiri tezinywa musaayi gwa bantu gwokka." }, { "english": "There are few people near the frozen circle but millions and millions of mosquitoes.", "luganda": "Waliwo abantu batono naye ensiri nnyingi eziriwo." }, { "english": "Mosquitoes that carry encephalitis seem to prefer bird blood hosts.", "luganda": "Ensiri ezitambuza obulwadde bw'obwongo obuyitibwa encephalitis zisinga kwagala musaayi gwa binyonyi." }, { "english": "These mosquitoes bite people when they get the chance.", "luganda": "Ensiri ezo ziruma abantu bwe zifuna akakisa." }, { "english": "From one hundred feet away mosquitoes can smell your scent.", "luganda": "Ensiri zisobola okukuwunyiriza ng'okyali fuuti kkumi okuva we ziri." }, { "english": "Biting flies can smell their prey from three hundred feet away.", "luganda": "Ensowera eziruma ziwunyiriza ekintu eky'okuluma nga kikyali fuuti bisatu okuva we ziri." }, { "english": "Mosquitoes respond to higher than average concentrations due to carbon dioxide.", "luganda": "Ensiri zaagala nnyo okujja awali abantu abawerako olw'omukka gwa carbon dioxide." }, { "english": "They follow your scent upwind and can see you at a distance.", "luganda": "Zigoberera olusu lwo nga zidda empewo gy'eva era ziba zisobola okukulengerera ewala." }, { "english": "One female mosquito lays one hundred to three hundred eggs at a time.", "luganda": "Ensiri emu enkazi ebiika amagi agali wakati w'ekikumi n'ebisatu buli lubiika." }, { "english": "Mosquitoes breed in standing water.", "luganda": "Ensiri zibiikira mu mazzi agalegamye." }, { "english": "Areas like rain gutters and tree holes are breeding sites.", "luganda": "Ensiri zizaalira nnyo mu bifo gamba nga ggata ezikwata amazzi g'enkuba n'ebinnya ebiba ku miti." }, { "english": "City roads have become impassable due to floods.", "luganda": "Enguudo z'omu bibuga nzibu okuyitamu olw'amataba." }, { "english": "There are fears that the forthcoming elections will be invalid.", "luganda": "Waliwo obweraliikirivu nti okulonda okujja kujja kusazibwamu." }, { "english": "The opposition civil society and other countries have voiced their fears.", "luganda": "Ab'oludda oluvuganya gavumenti abalwanirira eddembe ly'obuntu n'amawanga amalala balaze okutya kwe balina." }, { "english": "The participants called on security forces to stop arresting opposition members.", "luganda": "Abantu baasaba ab'eby'okwerinda okulekera awo okukwata ab'oludda oluvuganya gavumenti." }, { "english": "Med Kaggwa disciplined people who block opposition leaders from speaking on radios.", "luganda": "Med Kaggwa yaviira mu mbeera abantu abaali balemesa abakulembeze b'oludda oluvuganya okwogerera ku mikutu gya leediyo." }, { "english": "The journalist only survived a technical knockout by fleeing to safety.", "luganda": "Bannamawulire badduka ne beetegula ekibabu nga beewala okulemesebwa okweyongera okukola." }, { "english": "Your bail application will be put on hold.", "luganda": "Okusaba kwo okw'okuteebwa ku kakalu ka kkooti kujja kugira nga kuyimirizibwa." }, { "english": "He claimed the elections were manipulated.", "luganda": "Yagamba nti okulonda kwalimu okubba." }, { "english": "If you had believed so it is clear that you were wrong.", "luganda": "Bw'oba ng'ekyo wakikkiriza kyeyoleka lwatu nti wali mukyamu." }, { "english": "Women call for fair press coverage.", "luganda": "Abakazi basaba nabo baweebwe akakisa ekenkanankana ku mikutu gy'amawulire." }, { "english": "This allows researchers to observe these changes in living beating hearts.", "luganda": "Ekyo kisobozesa abanoonyereza okwetegereza enkyukakyuka ezo mu mitima egikyali emiramu era egikuba." }, { "english": "I am still reasonably quick even on a rim.", "luganda": "Era nkyavugira ku sipiidi wadde nga nvugira ku lupanka." }, { "english": "Mosquitoes locate blood hosts by scent sight and heat.", "luganda": "Ensiri zisobola okuzuula omuntu oba ekintu mwe zinaanuuna omusaayi nga ziwunyiriza olusu nga zikozesa amaaso oba nga zirondoola ebbugumu ly'omubiri." }, { "english": "One female mosquito may have up to three thousand offspring.", "luganda": "Ensiri emu enkazi eyinza okuzaala ensiri endala nga enkumi ssatu." }, { "english": "These people are from registered political parties.", "luganda": "Abantu bano bava mu bibiina by'obufuzi ebyewandiisa." }, { "english": "This happens when his opponents in the ring are journalists.", "luganda": "Kino kibaawo nga b'alwana nabo bannamawulire." }, { "english": "Think twice before you join any anti-government protests.", "luganda": "Lowooza nnyo nga tonneegatta ku keegugungo konna akagendereddwa okuwakanya gavumenti." }, { "english": "Participation in such a riot will expose you to charges of terrorism.", "luganda": "Bwe weenyigira mu keegugungo ng'ako osobola okusibibwako omusango ogw'obutujju." }, { "english": "The court is unsure whether you will jump bail and skip court when due for trial.", "luganda": "Kkooti teba nkakafu obanga oneewala akakalu ka kkooti era oleme kugenda mu kkooti kuwozesebwa ku lunaku lw'olina okugendayo." }, { "english": "Women often appear in the news for the wrong reasons.", "luganda": "Emirundi egisinga abakazi balabikira mu mawulire nga waliwo ekikyamu ekibatuuseeko." }, { "english": "The unfairness will not help in enabling women to achieve their full emancipation.", "luganda": "Obutali bwenkanya obwo tebusobola kuyamba bakazi kukozesa busobozi bwabwe mu bujjuvu." }, { "english": "The private lives of women leaders have interfered.", "luganda": "Abantu bayingirira nnyo ebintu ebitabakwatako ebikwata ku bakazi abakulembeze." }, { "english": "The men are always portrayed as strong.", "luganda": "Abasajja batera okwogerwako n'okulagibwa nti ba maanyi." }, { "english": "The workshop was to appeal to journalists to promote gender-responsive coverage.", "luganda": "Omusomo gwali gugendereddwa okukubiriza bannamawulire okuyisa abasajja n'abakazi kyenkanyi." }, { "english": "They have changed their positions and status.", "luganda": "Bakyusizza ekifo kyabwe n'embeera yaabwe." }, { "english": "The question is why do you remain in a system that cheated you?", "luganda": "Ekyebuuzibwa kiri nti lwaki osigala mu bantu abaakubba?" }, { "english": "Their fallout with the National Resistance Movement was driven by personal suffering.", "luganda": "Obutakwatagana na NRM kyava ku kubonaabona okwabwe ku bwabwe kwe baali bayitamu." }, { "english": "As long as they achieve their benefits the national interest could go to hell.", "luganda": "Ka sita kiba nti bo bafuna kye baagala ensonga ezikwata ku ggwanga tezibakwatako." }, { "english": "He will handle them like a father treats a repentant stubborn child.", "luganda": "Ajja kubayisa nga taata bw'ayisa omwana we ow'emputtu amala ne yeenenya." }, { "english": "Genuine revolutions never take back the values they hold dear.", "luganda": "Ebibiina ebirwanirira enkyukakyuka mu bwesimbu tebiggyawo mitindo bye gitwala nga mikulu." }, { "english": "It is only for political reasons.", "luganda": "Lwa nsonga za bya bufuzi zokka." }, { "english": "Once the political objectives have been achieved there is no need to hold on to them.", "luganda": "Ebigendererwa by'eby'obufuzi bwe bituukibwako tewali nsonga lwaki tulina okweyongera okubiremerako." }, { "english": "The major point in the breakup was whether to participate in the forthcoming elections.", "luganda": "Ensonga eyasinga okubatabula ye y'okwenyigira mu kulonda okuddako oba nedda." }, { "english": "Otunnu says the opposition should insist on a free and fair election.", "luganda": "Otunnu agamba nti ab'oludda oluvuganya balina okulemera ku nsonga ey'okulonda okuba okw'amazima n'obwenkanya." }, { "english": "The opposition can decide to participate in an election that is neither free nor fair.", "luganda": "Ab'oludda oluvuganya basobola okusalawo okwenyigira mu kulonda okutali kwa mazima na bwenkanya." }, { "english": "If they accept the terms of the race and participate in the elections.", "luganda": "Singa bakkiriza obukwakulizo obw'okuvuganya era ne beenyigira mu kulonda." }, { "english": "If they lose and refuse to accept defeat they will look like pretenders.", "luganda": "Singa bawangulwa naye ne bagaana okukkiriza nti bawanguddwa bajja kulabika ng'abatabadde na mulamwa naye nga beekoza bwekoza." }, { "english": "This will give them the skills and experience of running a national election.", "luganda": "Ekyo kijja kubawa obukugu n'obumanyirivu obw'okuddukanya okulonda." }, { "english": "In many situations choices can be difficult.", "luganda": "Mu mbeera nnyingi eky'okusalawo tekitera kuba kyangu." }, { "english": "Engaging in difficult cases requires hard negotiations.", "luganda": "Okwenyigira mu misango emizibu kyetaagisa enteeseganya ez'amaanyi." }, { "english": "This requires that we take care of the complexity of a situation.", "luganda": "Ekyo kiba kitwetaagisa okulowooza ku bizingirwa mu mbeera." }, { "english": "It had little money poor organization and harassment.", "luganda": "Kyalina ssente ntono nga tekitegekeddwa bulungi era nga kiyigganyizibwa." }, { "english": "Our country has grown a large private sector.", "luganda": "Mu ggwanga lyaffe kati mulimu abantu bangi abeekolera bizineesi ezaabwe ku bwabwe." }, { "english": "Unemployed youth who can be militants for change.", "luganda": "Abavubuka abatalina mirimu abasobola okufuuka abalwanyisa okuleetawo enkyukakyuka." }, { "english": "People are dying of simple diseases for lack of basic medical care.", "luganda": "Endwadde ennafu zitta abantu olw'okuba tebalina bujjanjabi bumala." }, { "english": "These failures offer the opposition a powerful platform to rally for change.", "luganda": "Ebintu ebyo gavumenti by'eremeddwa okukola biwa ab'oludda oluvuganya we basinziira okusaba wabeewo enkyukakyuka." }, { "english": "The opposition can decide to participate in an election that is neither free nor fair.", "luganda": "Ab'oludda oluvuganya basobola okusalawo okwenyigira mu kulonda okutali kwa mazima na bwenkanya." }, { "english": "The media gave them fair coverage.", "luganda": "Emikutu gy'empuliziganya gyabawa akakisa kyenkanyi." }, { "english": "Women suffer from the insensitive media much more than men.", "luganda": "Abakazi bakosebwa nnyo ebyo ebyogerwa oba ebiragibwa emikutu gy'empuliziganya egiteefiirayo okusinga abasajja." }, { "english": "They are being replaced by the vices they were meant to cure.", "luganda": "Emize emibi gye byalina okugonjoola ate gye gizze mu kifo kyabyo." }, { "english": "Why do you condemn the cheats but remain with them?", "luganda": "Lwaki munenya abakumpanya ate ne musigala nabo?" }, { "english": "Non-participation will stifle the voice of dispute in the electoral process.", "luganda": "Abateenyigiramu bajja kulemesa eddoboozi ly'okwemulugunya ku bikwata ku kulonda okuyitamu." }, { "english": "A stupid man looks for a problem in every opportunity.", "luganda": "Omusajja omusirusiru anoonya ekizibu mu buli kakisa k'aba afunye." }, { "english": "Our hospitals are collapsing under the weight of disrepair.", "luganda": "Amalwaliro gaffe gaggwaawo lwa butadaabirizibwa." }, { "english": "She won a gold medal during last year's sports competition.", "luganda": "Yawangula omudaali gwa zzaabu mu mpaka z'omwaka oguwedde." }, { "english": "She is a very fast runner.", "luganda": "Muddusi mulungi nnyo." }, { "english": "The hospital held a run as a way of collecting money for the cancer institute.", "luganda": "Eddwaliro lyassaawo emisinde okukungaanya ssente okuwagira ekitongole kya kkookolo." }, { "english": "All the witnesses for his case died in strange ways.", "luganda": "Abajulizi bonna mu musango gwe baafa mu ngeri etategeerekeka." }, { "english": "He got a job that he wasn't qualified for through his uncle.", "luganda": "Kkojja we yamusobozesa okufuna omulimu nga talina bisaanyizo ." }, { "english": "His bail was set to a small amount.", "luganda": "Ssente ze baamusaba okuteebwa ku kakalu ka kkooti zaali ntono." }, { "english": "A journalist had an interview with the justice about the situation.", "luganda": "Munnamawulire yayogerako n'omulamuzi ku mbeera eyo." }, { "english": "Our manager resigned from his position last week.", "luganda": "Maneja waffe yalekulira wiiki ewedde." }, { "english": "She was only interested in the political party's fame.", "luganda": "Ekintu kyokka kye yali ayagala lye ttutumu ly'ekibiika ky'obufuzi." }, { "english": "The political party lost half its members to its opponent.", "luganda": "Ekitundu kimu kya kubiri eky'abantu abaali mu kibiina ky'obufuzi ekyo baakivaamu ne beegatta ku kibiina ekirala." }, { "english": "The political party is planning a meeting to discuss the upcoming elections.", "luganda": "Ekibiina ky'obufuzi ekyo kiteekateeka olukungaana okwogera ku kulonda okuddako." }, { "english": "The whole group was needed for the event to take place.", "luganda": "Bonna baali beetaagibwa omukolo okugenda mu maaso." }, { "english": "He missed the deadline for his assignment.", "luganda": "Olunaku kwe yalina okumalirako omulimu gwe lwamuyitako." }, { "english": "I need three million Uganda shillings to join that school.", "luganda": "Nneetaaga obukadde busatu obwa ssente za Uganda okusobola okwegatta ku ssomero eryo." }, { "english": "She chose to do a degree in Computer Science without proper career guidance.", "luganda": "Yasalawo okutwala emisomo gya kompyuta nga tasoose kufuna bulagirizi bulungi." }, { "english": "His parents didn't know his academic performance was poor.", "luganda": "Bazadde be baali tebakimanyi nti takola bulungi ku ssomero." }, { "english": "The school holds career guidance events to help its students pick the right careers.", "luganda": "Essomero liteekawo omusomo ogw'okubangula abayizi baalyo ku ngeri y'okulondamu eby'okusomerera ." }, { "english": "The whole family enjoyed eating rice.", "luganda": "Bonna mu maka baali bawoomerwa nnyo omuceere." }, { "english": "Some people from Western Uganda like eating millet.", "luganda": "Abantu abamu mu bugwanjuba bwa Uganda bawoomerwa nnyo obulo." }, { "english": "Different African countries have their special dishes.", "luganda": "Abantu mu nsi ezitali zimu mu Afirika balina ebika by'emmere bya njawulo bye basinga okuwoomerwa." }, { "english": "She has a very successful saloon.", "luganda": "Saluuni ye ekola bulungi nnyo." }, { "english": "Her restaurant is always filled with people.", "luganda": "Buli kiseera ekirabo kye eky'emmere kiba kikubyeko abantu." }, { "english": "She has set up her restaurant in a good place.", "luganda": "Ekirabo kye eky'emmere yakiteeka mu kifo kirungi." }, { "english": "The building doesn't have a parking place for disabled people.", "luganda": "Ekizimbe tekirina kifo bantu balina bulemu we basobola kusimba." }, { "english": "His grandmother gave him a Bible after his baptism.", "luganda": "Bwe yamala okubatizibwa jjajja we omukazi yamuwa Bayibuli." }, { "english": "The church gave all its new followers Bibles to start their journey with God.", "luganda": "Ekkanisa yawa abagoberezi baayo bonna abapya Bayibuli basobole okutandika olugendo lwabwe ne Katonda." }, { "english": "The headmaster stole the money that had been collected for the new administration block.", "luganda": "Omukulu yabba ssente ezaali zikungaanyiziddwa okukozesebwa mu kuzimba ekizimbe ekipya eky'okuddukanyizaamu emirimu." }, { "english": "The auditor advised the company to chase some employees.", "luganda": "Omubalirizi w'ebitabo yawa kampuni amagezi okugoba abamu ku bakozi baayo." }, { "english": "The thieves missed a ten-year prison sentence.", "luganda": "Ababbi tebaaweebwa kibonerezo kya kusibibwa myaka kkumi." }, { "english": "The government set out plans to catch the corrupt officials in the public service.", "luganda": "Gavumenti yateekawo enteekateeka ez'okukwata abakozi ba gavumenti abalya enguzi." }, { "english": "Some village children stole their oranges yesterday.", "luganda": "Abaana abamu ku kyalo babbye emicungwa gyabwe." }, { "english": "A gang of teenage boys destroyed his farm late in the night.", "luganda": "Ekibinja ky'abavubuka kyayonoonye faamu ye ekiro mu ttumbi." }, { "english": "There was a lot of vanilla in the market last season.", "luganda": "Vanila yali mungu mu katale sizoni ewedde." }, { "english": "The farmer has already prepared for his losses.", "luganda": "Omulimi yamala dda okweteekerateekera ssente z'anaafiirwa." }, { "english": "My uncle found out he had intestinal cancer.", "luganda": "Kkojja wange yakimanya nti yalina kkookolo w'omu byenda." }, { "english": "He is receiving food from the hospital even though he's isn't a patient.", "luganda": "Eddwaliro limuwa emmere wadde nga simulwadde." }, { "english": "He opened another branch to help with the overpopulation problem.", "luganda": "Yaggulawo ettabi eddala okukendeeza ku mujjuzo gw'abantu." }, { "english": "The trade sector faces a problem of high costs of producing goods.", "luganda": "Bannabyabusuubuzi boolekagana n'ekizibu eky'ensaasaanya ennene eri mu kukola ebintu." }, { "english": "He advised the government to increase the funding to the trade sector.", "luganda": "Yawa gavumenti amagezi okwongera ku ssente z'ewa abasuubuzi." }, { "english": "He studied music while at university.", "luganda": "Yasoma bya nnyimba ku yunivasite." }, { "english": "Schools organize music dance and drama competitions to appreciate the different cultures in Uganda.", "luganda": "Amasomero gategeka empaka z'okuyimba okuzina n'emizannyo okutumbula eby'obuwangwa mu Uganda." }, { "english": "The pair of shoes she bought yesterday was already torn.", "luganda": "Engatto ze yaguze jjo zaabadde njulifu." }, { "english": "He sold high-quality sandals in his shop.", "luganda": "Engatto ze yatundanga mu dduuka lye zaabanga za mutindo mulungi nnyo." }, { "english": "The company launched a new type of sofas last week.", "luganda": "Wiiki ewedde kampuni yatongozza ekika ky'entebe ekipya." }, { "english": "The government announced a compulsory inspection of all pharmacies in Ntinda.", "luganda": "Gavumenti yagamba nti amaduuka g'eddagala gonna mu Ntinda galina okukeberebwa." }, { "english": "His money was stolen on leaving the bank by conmen.", "luganda": "Ababbi baamubbako ssente ze nga yaakava mu bbanka." }, { "english": "The lecturer advised the students to take some time and make their idea better.", "luganda": "Omusomesa ku yunivasite yagamba abayizi okutwala obudde bakakase nti ekirowoozo kyabwe kirungi." }, { "english": "Uganda has not yet reached middle-income status.", "luganda": "Uganda tennatuuka ku ssa lya kuba nti abantu baayo bafuna ssente ensaamusaamu." }, { "english": "The women walked barefoot for five kilometers to protest peacefully against domestic violence.", "luganda": "Abakazi baatambulidde mu bigere byereere olugendo lwa kiromita ttaano mu kwekalakaasa okw'emirembe nga bawakanya eky'okutulugunyizibwa mu maka." }, { "english": "The school is holding a rugby match between senior one and two students.", "luganda": "Essomero litegese empaka z'omuzannyo gwa lagibe wakati w'abayizi ba siniya esooka n'ey'okubiri." }, { "english": "Her two cousins went to work as house helps in Dubai.", "luganda": "Ab'enganda ze babiri baagenda Dubai kukola nga bakozi b'awaka." }, { "english": "There is an increase in the rate of organ trafficking in the Middle East.", "luganda": "Waliwo okweyongera mu kukukusa ebitundu by'omubiri gw'abantu mu nsi za Buwalabu." }, { "english": "A policeman beat up several journalists trying to cover the legislator's arrest.", "luganda": "Omusirikale yakubye bannamawulire abawerako abaabadde bagezaako okukwata ku kamera okukwatibwa kwa munnamateeka." }, { "english": "He had to pay a fine for knocking on his car.", "luganda": "Yabadde alina okutanzibwa olw'okukoona emmotoka ye." }, { "english": "She attended the court ruling and wrote a report about it.", "luganda": "Yaliwo mu lutuula lwa kkooti era n'akola alipoota ku byaliwo." }, { "english": "The East African Union focused on forming an army for the entire community.", "luganda": "Omukago gw'amawanga g'omu buvanjuba bwa Afirika essira gwalissa ku kussaawo eggye limu ery'amawanga ago gonna." }, { "english": "The graduates chose to join the army as it was the only employment source.", "luganda": "Abo abaamala emisomo gya yunivasite baasalawo okuyingira amagye olw'okuba emirimu gyali gibuze." }, { "english": "She attended the meeting and made a detailed report about it.", "luganda": "Yaliwo mu lukungaana olwo era n'akola alipoota ennambulukufu ku byalimu." }, { "english": "The East African community started with three countries.", "luganda": "Omukago gw'amawanga agali mu buvanjuba bwa Afirika gwatandika n'amawanga asatu." }, { "english": "She had a hard time moving her car from Mombasa to Uganda.", "luganda": "Tekyamubeerera kyangu kutambuza mmotoka ye kuva Mombasa kutuuka mu Uganda." }, { "english": "The East African community has many different cultures.", "luganda": "Omukago gw'amawanga agali mu buvanjuba bwa Afirika gulimu amawanga mangi ag'enjawulo." }, { "english": "She was buried at her husband's family home.", "luganda": "Yaziikibwa mu kyalo ky'omwami we." }, { "english": "The three friends met at his mother's wedding.", "luganda": "Ab'emikwano abo abasatu baasisinkana ku mbaga ya maama we." }, { "english": "The government officials had different stories about the missing money.", "luganda": "Abakungu ba gavumenti baali boogera ebintu bya njawulo ku ssente ezaali zibuze." }, { "english": "The two doctors had different opinions on his condition.", "luganda": "Abasawo ababiri baalina endowooza za njawulo ku mbeera ye." }, { "english": "Kenya has a good railway system.", "luganda": "Entambula y'eggaali y'omukka mu Kenya nnungi." }, { "english": "The men were building the office block slower than planned.", "luganda": "Ekizimbe kya ofiisi abasajja baali bakizimba mpola." }, { "english": "She was praised for doing her work faster than the rest of the staff.", "luganda": "Yatenderezebwa olw'okukola omulimu gwe mangu okusinga abakozi abalala." }, { "english": "He traveled to Rwanda to report the story.", "luganda": "Yagenda e Rwanda okuwa alipoota ku byali bigenda mu maaso." }, { "english": "Many legislators attended his burial to respect his last wish.", "luganda": "Bannamateeka bangi baaliwo ku kuziika kwe nga bwe yali asabye." }, { "english": "She was remembered as a good leader.", "luganda": "Yajjukirwa ng'omukulembeze omulungi." }, { "english": "They have not yet received the payment promised to them after displacing them.", "luganda": "Tebannafuna ssente ze baabasuubiza okubawa oluvannyuma lw'okusengulwa." }, { "english": "She was evicted from her home as it was in the new road's way.", "luganda": "Yasengulwa okuva mu maka ge olw'okuba ekkubo eppya we lyali liyita." }, { "english": "The whole village was out of food because of the famine.", "luganda": "Ekyalo kyonna tekyalina mmere olw'enjala." }, { "english": "The villagers learned to ignore the hippopotamus and carry on with their fishing.", "luganda": "Ab'oku kyalo baatuuka ne bamanyiira envubu ne beeyongera okuvuba." }, { "english": "Sometimes elephants' waste is used as manure in the people's gardens.", "luganda": "Oluusi obusa bw'enjovu abantu babukozesa ng'ebigimusa mu nnimiro zaabwe." }, { "english": "Some trees are used for making paper.", "luganda": "Emiti egimu gikolebwamu empapula." }, { "english": "Kampala Capital City Authority has given farmers disease-resistant maize seedlings.", "luganda": "KCCA ewadde abalimi ensigo za kasooli ezigumira obulwadde." }, { "english": "Market vendors get Irish potatoes from Kabale.", "luganda": "Abasuubuzi b'omu butale obumonde obuzungu babuggya Kabale." }, { "english": "The landlady chased him from her house for violating noise regulations.", "luganda": "Nnannyini mayumba yamugoba ku mayumba ge olw'okuba yali aleekaanira abalala kyokka nga kyali tekikkirizibwa." }, { "english": "The court ordered the two men to leave the house.", "luganda": "Kkooti yalagira abasajja ababiri okuva mu nnyumba." }, { "english": "The president held a moment of silence for the legislator during his address.", "luganda": "Pulezidenti bwe yali ayogera yasiriikiriramu ku lw'omwoyo gwa munnamateeka eyali afudde." }, { "english": "His family and friends held a burial mass for him at the family's cathedral.", "luganda": "Ab'enganda ze ne mikwano gye baakungaanira mu ssinzizo okumusabira." }, { "english": "Fifty women were recognized for their contributions to the country last Monday.", "luganda": "Ku lunaku lwa Bbalaza oluwedde abakazi amakumi ataano baaweebwa ebitiibwa olw'ebintu bye bakoledde eggwanga." }, { "english": "The court dismissed all the testimonies against the kidnapper.", "luganda": "Kkooti yagoba obujulizi bwonna obwali buleeteddwa okulumika agambibwa okuwamba." }, { "english": "The police had a detailed report about the kidnap.", "luganda": "Poliisi yalina alipoota ennambulukufu ku kuwamba okwo." }, { "english": "They hold services at Rubaga Cathedral every Sunday.", "luganda": "Basabira mu ssinzizo ly'e Rubaga buli lwa Ssande." }, { "english": "Nsambya hospital opened a diabetes clinic for young children.", "luganda": "Eddwaliro ly'e Nsambya lyaggulawo akalwaliro k'abaana abalina obulwadde bwa ssukaali." }, { "english": "The cosmetics industry makes hair products.", "luganda": "Ekkolero ly'ebizigo eryo likola bizigo bya nviiri." }, { "english": "Eight women formed a foundation to fight for women's rights in workplaces.", "luganda": "Abakazi munaana baatandikawo ekibiina ekirwanirira eddembe ly'abakazi ku mirimu." }, { "english": "Some legislators were against the foundations set up to help women.", "luganda": "Bannamateeka abamu baali bawakanya eky'okussaawo ekibiina ekiyamba abakazi." }, { "english": "Each East African country has a representative in the East African Legislative Assembly.", "luganda": "Buli ggwanga mu buvanjuba bwa Afirika lirina omukiise mu lukiiko lw'amawanga agali mu mukago gw'amawanga g'omu buvanjuba bwa Afirika." }, { "english": "Her husband died and she was left to care for their seven children.", "luganda": "Omwami we yafa n'amulekera abaana musanvu ab'okulabirira." }, { "english": "The company ensured both women and men received the same salary.", "luganda": "Kampuni yakakasa nti abasajja n'abakazi bombi bafuna omusaala gwe gumu." }, { "english": "Uganda has a female Vice President.", "luganda": "Uganda erina omumyuka wa pulezidenti omukazi." }, { "english": "During her days as the Inspectorate of Government many women were employed in the office.", "luganda": "Mu kiseera we yabeerera yinsipekita wa gavumenti abakazi bangi baafuna emirimu mu ofiisi za gavumenti." }, { "english": "Her parents created a college savings account after her birth.", "luganda": "Bwe yamala okuzaalibwa bazadde be baamuggulirawo akawunta kwe bassa ssente ze ez'essomero." }, { "english": "She got a loan from the bank to start her business.", "luganda": "Yeewola ssente mu bbanka okusobola okutandikawo bizineesi ye." }, { "english": "The girls were encouraged to create savings accounts while at university.", "luganda": "Abawala baabakubiriza okutandika okuterekawo ssente nga bakyali ku yunivasite." }, { "english": "The government is determined to fight hunger and famine.", "luganda": "Gavumenti emaliridde okulwanyisa enjala." }, { "english": "I made more friends last year.", "luganda": "Nnakola emikwano mingi omwaka oguwedde." }, { "english": "She set off to travel across North Africa.", "luganda": "Yasimbula okugenda okutalaaga amawanga g'omu bukiikakkono bwa Afirika." }, { "english": "The tourists ran through Algeria and Libya and stopped in Egypt to visit the pyramids.", "luganda": "Abalambuzi baayita mu Algeria ne Libya ne bayimiriramu nga batuuse mu Misiri okulambula eminaala." }, { "english": "The sailors turned and headed east following the River Nile to East Africa.", "luganda": "Abaali basaabala baakyuka ne boolekera oludda olw'ebuvanjuba nga bagoberera Omugga Kiyira ne batuuka mu Buvanjuba bwa Afirika." }, { "english": "The animals ran through the desert and the national park.", "luganda": "Ensolo zidduka ne ziyita mu ddungu ne mu kkuumiro ly'ebisolo." }, { "english": "More young people joined the team in Uganda.", "luganda": "Abavubuka abalala beegatta ku ttiimu eyali mu Uganda." }, { "english": "The group ran into Kenya and headed for its coast and the city of Mombasa.", "luganda": "Ekibinja kyadduka ne kiyingira Kenya ne kyolekera omwalo gwayo n'ekibuga ky'e Mombasa." }, { "english": "The tourists sat on the beach and ate coconut rice with fish.", "luganda": "Abalambuzi baatuula ku biici ne balya omuceere gwe bakoze mu binazzi nga baguliirako ebyennyanja." }, { "english": "Let us take the unity torch to mountain Kilimanjaro in Tanzania.", "luganda": "Ka tutwalee tooci y'obumu ku lusozi Kilimanjaro mu Tanzania." }, { "english": "He was very tired.", "luganda": "Yali mukoowu nnyo." }, { "english": "My grandmother has passed away after a short illness.", "luganda": "Jjajja wange omukazi yafudde oluvannyuma lw'okulwalira ebbanga ttono." }, { "english": "The runners stopped the race.", "luganda": "Abaddusi baayimirizaamu emisinde." }, { "english": "Everyone came to help him when the accident occurred.", "luganda": "Bwe yagwa ku kabenje buli omu yajja okumuyamba." }, { "english": "It would be good to add give some incentives to the policemen.", "luganda": "Kyandibadde kirungi okuwa abapoliisi akasiimo." }, { "english": "You can carry the torch to mountain Kilimanjaro.", "luganda": "Osobola okutwala tooci ku lusozi Kilimanjaro." }, { "english": "Let us light a flame for African unity.", "luganda": "Ka tukume omuliro ku lw'obumu bwa Afirika." }, { "english": "The group of runners headed into southern Africa.", "luganda": "Ekibinja ky'abaddusi baayolekera ebukiikaddyo bwa Afirika." }, { "english": "People cheered the runners saying, \"You are our heroes.\"", "luganda": "Abantu baakubira abaddusi enduulu nga bwe babagamba nti,\"Mmwe bazira baffe\"." }, { "english": "The rest of my friends are going to the next country.", "luganda": "Mikwano gyange emirala boolekedde ensi eddako." }, { "english": "We have run from the farthest point in southern Africa to North Africa.", "luganda": "Tudduse okuva mu kitundu kya Afirika ekisingayo okuba ewala mu bukiikaddyo ne tutuuka mu kitundu kya Afirika ekisingayo ewala mu bukiikakkono." }, { "english": "We are in the southern region of the country again.", "luganda": "Kati tukomyewo mu kitundu ky'eggwanga eky'ebukiikaddyo." }, { "english": "Our journey is ending today.", "luganda": "Olugendo lwaffe lukoma leero." }, { "english": "Crowds gathered at the finishing point cheering to welcome the tired runners.", "luganda": "Abantu bangi baakungaanira awamalirwa okwaniriza abaddusi abaali bakooye." }, { "english": "He made it to the finishing line.", "luganda": "Yamalako embiro." }, { "english": "Who won the race?", "luganda": "Ani yawangula embiro?" }, { "english": "The book had ten paragraphs only.", "luganda": "Ekitabo kyalimu obutundu kkumi bwokka." }, { "english": "A boy was hiding in the bush.", "luganda": "Waliwo omulenzi eyali yeekwese mu nsiko." }, { "english": "He had a twin sister.", "luganda": "Yalina mwannyina omulongo." }, { "english": "When their mother and father died they went to stay with their uncle.", "luganda": "Maama waabwe ne taata waabwe bwe baafa baagenda okubeera ne kojja waabwe." }, { "english": "She treated the boys badly.", "luganda": "Yayisa bubi abalenzi." }, { "english": "The children were given thin porridge only once a day for food.", "luganda": "Abaana yabawanga obuugi butono nnyo omulundi gumu olunaku ng'emmere." }, { "english": "He ran away from home because of a disagreement with his wife.", "luganda": "Yadduka awaka olw'obutakwatagana bwe yalina ne mukyala we." }, { "english": "She found a cave to live in.", "luganda": "Yafuna empuku omw'okusula." }, { "english": "The cannibals were living in the hills.", "luganda": "Abalya abantu baali babeera mu bitundu by'ensozi." }, { "english": "He made a strong door to cover the entrance.", "luganda": "Yakola oluggi lw'omu mulyango olugumu." }, { "english": "He warned his sister to stay in the cave while he went out hunting.", "luganda": "Yagamba mwannyina aleme kuva mu mpuku nga ye agenze okuyigga." }, { "english": "Cannibals love the smell of cooking meat.", "luganda": "Abalya abantu baagala nnyo evvumbe ly'ennyama efumbibwa." }, { "english": "Each evening he brought meat at home.", "luganda": "Buli kawungeezi yaleetanga ennyama awaka." }, { "english": "He asked her to open the cave.", "luganda": "Yamugamba okuggulawo empuku." }, { "english": "Take your time to swallow your food properly.", "luganda": "Lya mpolampola emmere yo nga topapa." }, { "english": "The door had two holes in it.", "luganda": "Oluggi lwaliko ebituli bibiri." }, { "english": "He found it very boring to stay in the cave all day.", "luganda": "Yawuliranga ekiwuubaalo okusigala mu mpuku olunaku lwonna." }, { "english": "One day when her brother had gone she went out to explore.", "luganda": "Lumu mwannyina bwe yali agenze yafuluma okulambula ekitundu." }, { "english": "She found a stream to play in and some trees to climb.", "luganda": "Yasanga akagga omw'okuzannyira n'emiti egy'okulinnya." }, { "english": "She felt free and happy.", "luganda": "Yawulira ng'afunye eddembe n'essanyu." }, { "english": "Perhaps she thought there are no criminals.", "luganda": "Oboolyawo yalowooza nti tewali balabe." }, { "english": "Uncle said that there were cannibals just to frighten us.", "luganda": "Kirabika kkojja yatugamba nti waliwo abalya abantu ng'ayagala kututiisa butiisa." }, { "english": "The next day she felt bold enough to make a fire to warm herself.", "luganda": "Ku lunaku olwaddako yafuna obuvumu okukuma omuliro okubuguma." }, { "english": "She made a fire inside the cave with the door firmly shut.", "luganda": "Yakuma omuliro munda mu mpuku ng'oluggi alugadde bulungi." }, { "english": "I am sure it will not matter if I put a little meat on the fire.", "luganda": "Nkimanyi tewajja kuba buzibu bwonna singa nkalirira ennyama ntono ku muliro." }, { "english": "It will be so good to have a cooked meal.", "luganda": "Kijja kuba kirungi singa tuba n'eky'okulya ekifumbe." }, { "english": "Her brother sang for her.", "luganda": "Mwannyina yamuyimbira." }, { "english": "My dress has two holes.", "luganda": "Ekiteeteeyi kyange kiriko ebituli bibiri." }, { "english": "She opened the door and let him in.", "luganda": "Yamuggulirawo oluggi n'ayingira." }, { "english": "I dried the meat in the sun outside the cave.", "luganda": "Nnayanise ennyama mu musana wabweru w'empuku." }, { "english": "He and the sister sat down to enjoy the meal together.", "luganda": "Ye ne mwannyina baatuula okuliira awamu emmere." }, { "english": "The next day she made a fire and cooked meat again.", "luganda": "Ku lunaku olwaddako yaddamu n'akuma omuliro n'afumba ennyama." }, { "english": "She had a voice singing outside the door.", "luganda": "Yawulira eddoboozi ly'omuntu ayimbira wabweru w'oluggi." }, { "english": "The voice did not sound like her brother's.", "luganda": "Eddoboozi teryawulikika nga lya mwannyina." }, { "english": "She refused to fetch water.", "luganda": "Yagaana okukima amazzi." }, { "english": "You are not my brother.", "luganda": "Si ggwe mwannyinaze." }, { "english": "Your voice is not like his.", "luganda": "Eryo si lye ddoboozi lye." }, { "english": "She felt safe in the cave.", "luganda": "Yawulira ng'alina obukuumi munda mu mpuku." }, { "english": "He sings on the streets.", "luganda": "Ayimbira mu nguudo." }, { "english": "We are related by blood.", "luganda": "Twerinako oluganda." }, { "english": "The patients must swallow their medicine on time.", "luganda": "Abalwadde balina okumira eddagala lyabwe mu budde." }, { "english": "She has a good voice.", "luganda": "Alina eddoboozi ddungi." }, { "english": "He has a hairy body.", "luganda": "Alina ebyoya bingi ku mubiri." }, { "english": "He grabbed him before he could run away.", "luganda": "Yamukwata nga tannadduka." }, { "english": "He had time to pick up some ashes from the fire.", "luganda": "Yalina n'obudde okubaako evvu ly'aggya ku kyoto." }, { "english": "The path was very bushy.", "luganda": "Akakubo kaalimu ensiko nnyingi." }, { "english": "He managed to trap a hive full of bees.", "luganda": "Yasobola okufuna omubisi mu kifo awaali enjuki ennyingi." }, { "english": "He carried the food over his shoulder.", "luganda": "Emmere yagisitulira ku kibegaabega." }, { "english": "When he came to the house he found the door open.", "luganda": "Bwe yakomawo we baali basula yasanga oluggi luggule." }, { "english": "Ashes were pointing the way into the woods.", "luganda": "Yalaba evvu nga lisonga mu kibira." }, { "english": "He followed the ash along the path until he saw a fire in the distance.", "luganda": "Yagoberera evvu we lyagenze liyiika mu kakubo okutuusa we yatuuka awantu ng'alengera omuliro ogukumiddwa." }, { "english": "He hurt his leg.", "luganda": "Yafuna ekiwundu ku kigere." }, { "english": "I need some water.", "luganda": "Njagala mmazzi." }, { "english": "He promised not to touch my bag.", "luganda": "Yasuubiza obutakwata ku nsawo yange." }, { "english": "He put the bag carefully in his hut.", "luganda": "Ensawo yagissa mu kasiisira ke n'obwegendereza." }, { "english": "She climbed the tree to pick mangoes.", "luganda": "Yalinnya omuti okufuna emiyembe." }, { "english": "My bag was stolen.", "luganda": "Ensawo yange baagibba." }, { "english": "Let us wait and see what will happen.", "luganda": "Ka tulinde tulabe ekinaabaawo." }, { "english": "His son and daughter came with him.", "luganda": "Mutabani we ne muwala we bajja naye." }, { "english": "She has a beautiful bag.", "luganda": "Alina ensawo ennungi." }, { "english": "The bees stung her hand.", "luganda": "Enjuki zaamuluma omukono." }, { "english": "He told his son to help her.", "luganda": "Yagamba mutabani we amuyambe." }, { "english": "Today's weather is the same as that of yesterday.", "luganda": "Embeera y'obudde leero eringa eya jjo." }, { "english": "He has entered the house.", "luganda": "Ayingidde mu nnyumba." }, { "english": "He opened the bag himself.", "luganda": "Ye kennyini ye yasumuludde ensawo." }, { "english": "The angry bees swarmed out and stung his head nose and eyes.", "luganda": "Enjuki ezaaliko obusungu zaafulumayo ne zimuluma omutwe ennyindo n'amaaso." }, { "english": "He cried out in pain.", "luganda": "Yakaaba ng'awulira obulumi." }, { "english": "His head stuck fast in the mud.", "luganda": "Omutwe yagussa mangu mu bisooto." }, { "english": "The piece of wood caught fire.", "luganda": "Oluku lwakwata omuliro." }, { "english": "There is a beehive in the forest.", "luganda": "Waliwo ekiyumba ky'enjuki mu kibira." }, { "english": "He ate delicious honey from the hive.", "luganda": "Yalya omubisi oguwooma okuva mu kiyumba ky'enjuki." }, { "english": "Storybooks are good for children.", "luganda": "Ebitabo by'engero birungi eri abaana." }, { "english": "Our lectures have not yet started.", "luganda": "Abasomesa baffe ku yunivasite tebannatandika." }, { "english": "The robbers who have been threatening the villagers have been arrested.", "luganda": "Ababbi ababadde batigomya ekyalo bakwatiddwa." }, { "english": "My neighbor was arrested yesterday.", "luganda": "Muliraanwa wange yakwatiddwa jjo." }, { "english": "Thieves beat him to death and stole his motorcycle.", "luganda": "Ababbi baamukubye ne bamutta ne babba pikipiki ye." }, { "english": "Some politicians make promises to voters but after elections they never visit the constituents.", "luganda": "Bannabyabufuzi abamu basuubiza abalonzi ebintu bingi naye oluvannyuma lw'okubalonda tebakomawo kulambula bantu baabalonda." }, { "english": "Some politicians do not care about the problems affecting their constituencies.", "luganda": "Bannabyabufuzi abamu tebafaayo ku bizibu ebiruma abantu mu bitundu byabwe." }, { "english": "He suggests that the new team should come from different backgrounds for diversity.", "luganda": "Yawa ekirowoozo nti ttiimu empya ebeemu abantu okuva mu mbeera ez'enjawulo." }, { "english": "Circumcision is a very important tradition in some cultures.", "luganda": "Okukomola kalombolombo kakulu mu buwangwa obumu." }, { "english": "She was involved in a car accident last Christmas.", "luganda": "Yagwa ku kabenje ku Ssekukulu ewedde." }, { "english": "The police and the army are working together to improve security in the country.", "luganda": "Poliisi n'amagye bakolera wamu okunyweza eby'okwerinda mu ggwanga." }, { "english": "Many vendors are in sorrow after their property was destroyed during the attack.", "luganda": "Bannabyabusuubuzi bangi bali mu nnaku olw'okuba ebintu byabwe byayonooneddwa mu bulumbaganyi." }, { "english": "The person responsible for the attack on the locals has been arrested.", "luganda": "Omuntu avunaanyizibwa ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku batuuze akwatiddwa." }, { "english": "The suspect is being protected by top officials.", "luganda": "Ateeberezebwa akuumibwa abakuumaddembe ab'oku ntikko." }, { "english": "She forged a doctor's note to dodge work yesterday.", "luganda": "Yajingiridde ekiwandiiko ky'omusawo asobole obutagenda kukola ku mulimu jjo." }, { "english": "The demand for local organic products is low on the market.", "luganda": "Abantu batono abaagala ebintu ebikoleddwa mu bintu eby'obutonde ebya wano." }, { "english": "Some people prefer to buy rice that was processed from outside countries.", "luganda": "Abantu abamu baagala kugula muceere guvudde mu nsi za bweru." }, { "english": "The locals were screaming with excitement when their team won the match.", "luganda": "Abatuuze baasanyuse nnyo olwa ttiimu yaabwe okuwangula." }, { "english": "My goal for this new year is to lose weight.", "luganda": "Ekiruubirirwa kye nnina omwaka guno kya kusala mubiri." }, { "english": "She attended the new year's party at my place.", "luganda": "Omwaka omuggya yagujaganyirizza wange." }, { "english": "Some people threw parties at their homes with lots of food and drinks.", "luganda": "Abantu abamu baategese obubaga mu maka gaabwe nga kuliko eby'okulya n'eby'okunywa bingi." }, { "english": "He was badly hurt during the fight.", "luganda": "Yakoseddwa nnyo mu kiseera kye yamaze mu nnyonyi." }, { "english": "The fans were angry that she made them wait for over six hours.", "luganda": "Abawagizi banyiize olw'okuba yabalinzizza okumala essaawa ezisukka mu mukaaga." }, { "english": "Some footballers use their earnings to help those in need within their communities.", "luganda": "Abazannyi b'omupiira abamu bakozesa ssente ze bafuna okuyamba abantu abali mu bitundu byabwe." }, { "english": "He has donated ten million Ugandan shillings to that orphanage.", "luganda": "Yawaddeyo ssente za Uganda obukadde kkumi eri ekifo ekyo awakuumirwa bamulekwa." }, { "english": "He hopes that the team will make it to the finals.", "luganda": "Asuubira nti ttiimu egya kutuuka ku fayinolo." }, { "english": "Playing helps children to develop healthy brains.", "luganda": "Okuzannya kuyamba obwongo bw'abaana okukola obulungi." }, { "english": "Parents are encouraged to interact with their children for bonding.", "luganda": "Abazadde bakubirizibwa okufunangayo akadde okubeerako n'abaana baabwe basobole okunyweza enkolagana yaabwe nabo." }, { "english": "The cost of electricity has increased.", "luganda": "Bbeeyi y'amasannyalaze erinnye." }, { "english": "That company is spending a lot of money on electricity.", "luganda": "Kampuni eyo ekozesa ssente nnyingi ku masannyalaze." }, { "english": "The increase in the price of cement is caused by the high production cost.", "luganda": "Okulinnya kw'ebbeeyi ya seminti kuvudde ku nsaasaanya ennene eri mu kumukola." }, { "english": "The school has the best football team in the whole country.", "luganda": "Essomero eryo lirina ttiimu y'omupiira esinga obulungi mu ggwanga." }, { "english": "Their team has won the interschool finals for the past two years.", "luganda": "Essomero lyabwe liwangudde empaka z'omupiira ez'amasomero emyaka ebiri egiyise egy'omuddiringanwa." }, { "english": "The players are training ahead of the competition this Friday.", "luganda": "Abazannyi beegezaamu nga beetegekera omupiira gw'oku Lwokutaano luno." }, { "english": "The footballers in this year's league are very talented.", "luganda": "Abazannyi b'omupiira mu liigi y'omwaka guno bazannyi balungi nnyo." }, { "english": "The ceremony was postponed because the organizers could not agree on a venue.", "luganda": "Omukolo gwayongezeddwayo kubanga abategesi baalemeddwa okukkiriziganya ku kifo aw'okugukolera." }, { "english": "Some children are abandoned by their parents because they are lame.", "luganda": "Abaana abamu bazadde baabwe babasuulawo olw'okuba balema." }, { "english": "The company donated food and clothes to the home for the disabled.", "luganda": "Kampuni yawaddeyo emmere n'engoye eri ekifo abaliko obulemu gye bakuumirwa." }, { "english": "They lost the match yesterday.", "luganda": "Baakubiddwa omupiira jjo." }, { "english": "Our school football team has qualified for the national interschool competition.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira ey'essomero lyaffe yayiseemu okwenyigira mu mpaka z'omupiira ez'amasomero." }, { "english": "The price of sugar has increased to four thousand Ugandan shillings.", "luganda": "Bbeeyi ya ssukaali erinnye nga kati agula ssente za Uganda enkumi nnya." }, { "english": "There are few sugarcane farmers in the country.", "luganda": "Abalimi b'ebikajjo batono mu ggwanga." }, { "english": "He will share the meeting minutes with us.", "luganda": "Ajja kutuwa ebyayogeddwako mu lukungaana." }, { "english": "He is retiring from professional running.", "luganda": "Anyuse omuzannyo gw'okudduka." }, { "english": "The team is recruiting new footballers.", "luganda": "Ttiimu eyingiza abazannyi b'omupiira abapya." }, { "english": "A new committee has been appointed to supervise the project.", "luganda": "Akakiiko akapya kalondeddwa okulabirira omulimu." }, { "english": "The lecturers have not received their salaries for three months.", "luganda": "Abasomesa ku yunivasite bamaze emyezi esatu nga tebabasasula misaala gyabwe." }, { "english": "The company has no money to pay debts.", "luganda": "Kampuni terina ssente za kusasula mabanja." }, { "english": "The school will remain closed.", "luganda": "Essomero lijja kusigala nga liggale." }, { "english": "He already knew that he had lost the election to his opponent.", "luganda": "Yakimanyirawo nti awanguddwa mu kalulu." }, { "english": "He has been voted president of the country.", "luganda": "Alondeddwa okuba omukulembeze w'eggwanga." }, { "english": "He has been sentenced to ten years in prison for robbery.", "luganda": "Asaliddwa omusango gwa kusibibwa myaka kkumi mu kkomera lwa bubbi." }, { "english": "His trial will be held in two weeks.", "luganda": "Ajja kuwozesebwa mu wiiki bbiri." }, { "english": "They are not allowed beyond the gate.", "luganda": "Tebakkirizibwa kusukka ggeeti." }, { "english": "Some locals have planned to riot if he is not released.", "luganda": "Abatuuze abamu beeteeseteese okwekalakaasa singa tateebwa." }, { "english": "He was arrested for attacking his neighbors with a panga on their land.", "luganda": "Yakwatiddwa olw'okulumba baliraanwa be ku ttaka lyabwe ng'alina ejjambiya." }, { "english": "The elevator doors refused to open because there was no power.", "luganda": "Enzigi za lifuti zaagaanye okweggula kubanga tekwabadde masannyalaze." }, { "english": "Some of the locals were panicking.", "luganda": "Abatuuze abamu baabadde basattira." }, { "english": "They failed to put out the fire on their own.", "luganda": "Baalemeddwa okuzikiza omuliro ku lwabwe." }, { "english": "The city is very peaceful and organized.", "luganda": "Ekibuga kirimu emirembe era kitegeke." }, { "english": "The city has good roads and beautiful buildings.", "luganda": "Ekibuga kirimu enguudo ennungi n'ebizimbe ebirabika obulungi." }, { "english": "He showed us all the nice hotels around the city.", "luganda": "Yatulaga wooteeri zonna ennungi eziri mu kibuga." }, { "english": "The government has changed some sections of the constitution.", "luganda": "Gavumenti ekyusizza obuwaayiro obumu obuli mu ssemateeka." }, { "english": "The government is constructing a new road in our district.", "luganda": "Gavumenti ezimba oluguudo olupya mu disitulikiti yaffe." }, { "english": "There is a high crime rate in the slum areas of Kampala.", "luganda": "Ebifo eby'omugotteko mu Kampala birimu obumenyi bw'amateeka bungi." }, { "english": "We went to Mecca last year.", "luganda": "Omwaka oguwedde twagenda e Mecca." }, { "english": "There is good security in the city.", "luganda": "Eby'okwerinda birungi mu kibuga." }, { "english": "There has been a decrease in theft cases in that area.", "luganda": "Obubbi bukendedde mu kitundu ekyo." }, { "english": "The locals reported the people they suspected to be robbing them to the police.", "luganda": "Abatuuze baawawaabidde ku poliisi abantu be bateebereza okubabba." }, { "english": "Most offices have two security guards.", "luganda": "Ofiisi ezisinga obungi zirina abakuumi babiri." }, { "english": "We celebrated Christmas day last week.", "luganda": "Ssekukkulu twagikuza wiiki ewedde." }, { "english": "We toured some of the old buildings in the country.", "luganda": "Twalambula ebimu ku bizimbe ebikadde mu ggwanga." }, { "english": "She is contesting for the post of district chairperson.", "luganda": "Yeesimbyewo ku kifo ky'obwa ssentebe wa disitulikiti." }, { "english": "He won the mayoral election with more votes than any other candidate.", "luganda": "Yawangudde obwa meeya n'obululu bungi okusinga abalala bonna abeesimbawo." }, { "english": "She came second in the elections for district speaker.", "luganda": "Yakwata kya kubiri mu kulonda kw'omwogezi wa disitulikiti." }, { "english": "Some presidential candidates are completely forgotten after the elections.", "luganda": "Abamu ku abo abeesimbawo ku bwa pulezidenti beerabirirwa ddala oluvannyuma lw'okulonda." }, { "english": "She was one of the candidates for the post of village chairperson.", "luganda": "Y'omu ku beesimbawo ku bwa ssentebe w'ekitundu." }, { "english": "The new powerhouse will reduce load shedding in the country.", "luganda": "Ekkolero ly'amasannyalaze eppya lijja kukendeeza ku kuvaako kw'amasannyalaze mu ggwanga." }, { "english": "The facility distributes electricity to schools and hospitals in the area.", "luganda": "Ekkolero ly'amasannyalaze eryo liwa amasomero n'amalwaliro g'omu kitundu amasannyalaze." }, { "english": "She pays a lot of taxes because she owns several businesses in the city.", "luganda": "Asasula omusolo mungi kubanga alina bizineesi nnyingi mu kubuga." }, { "english": "Every Ugandan who earns a monthly salary is required to pay tax to the government.", "luganda": "Buli Munnayuganda afuna omusaala buli mwezi alina okusasula gavumenti omusolo." }, { "english": "She did not have the political party's support in the elections.", "luganda": "Ekibiina tekyamuwagira mu kulonda." }, { "english": "The owner of that company only hires his relatives.", "luganda": "Nnanyini kampuni emirimu agiwa banganda ze bokka." }, { "english": "The country can’t be run by one family.", "luganda": "Eggwanga terisobola kuddukanyizibwa ba mu maka gamu bokka." }, { "english": "There are many rules followed when filing a case against someone in court.", "luganda": "Waliwo amateeka mangi agagobererwa ng'owawaabira omuntu omusango mu kkooti." }, { "english": "They didn't have to collect our signatures.", "luganda": "Kyali tekibeetaagisa kufuna mikono gyaffe." }, { "english": "All the traders who were operating without licenses were arrested.", "luganda": "Abasuubuzi bonna abaali bakola nga tebalina layisinsi baakwatibwa." }, { "english": "The foreigners who operate businesses without licenses should be sent back to their countries.", "luganda": "Abagwira abakola bizineesi nga tebalina layisinsi basaanidde okuzzibwayo mu nsi zaabwe." }, { "english": "He left the ruling party and joined the opposition.", "luganda": "Yava mu kibiina ekiri mu buyinza ne yeegatta ku ludda oluvuganya gavumenti." }, { "english": "She is the wife of one of Uganda's top opposition leaders.", "luganda": "Mukyala w'omu ku b'oludda oluvuganya ab'amaanyi." }, { "english": "She was born sixty-two years ago to a very poor family.", "luganda": "Yazaalibwa emyaka nkaaga mu ebiri emabega mu maka amaavu ennyo." }, { "english": "The city has so many police officers deployed on its streets.", "luganda": "Abasirikale ba poliisi bangi bayiiriddwa ku nguudo z'ekibuga." }, { "english": "Many businesses are prospering because of the country's security.", "luganda": "Bizineesi nnyingi zitambula bulungi olw'okuba eby'okwerinda mu ggwanga birungi." }, { "english": "They must protect the locals from criminals.", "luganda": "Balina okukuuma abatuuze okuva eri abamenyi b'amateeka." }, { "english": "The world cannot judge their country for protecting its citizens.", "luganda": "Amawanga amalala tegasobola kunenya ggwanga lwa kukuuma batuuze baalyo." }, { "english": "There were wars in the country which caused the death of many locals.", "luganda": "Wabaddewo entalo nnyingi mu ggwanga eziviiriddeko abantu ba bulijjo bangi okufa." }, { "english": "The people will vote on their phones which is unfair.", "luganda": "Abantu bajja kulondera ku masimu gaabwe ekintu ekitali kya bwenkanya." }, { "english": "The winning candidate has to have more people standing behind him.", "luganda": "Omuwanguzi alina okuba n'omuwendo gw'abantu abasinga obungi abasimbye emabega we." }, { "english": "As children grow they begin to ask complicated questions.", "luganda": "Abaana bwe bagenda bakula batandika okubuuza ebibuuzo ebizibu." }, { "english": "Children should be taught the value of saving from a young age.", "luganda": "Okuviira ddala mu buto abaana basaanidde okuyambibwa okumanya obukulu bw'okuterekawo ssente." }, { "english": "He was a guest speaker on the radio station this morning.", "luganda": "Yayogeredde ku leediyo ku makya ga leero." }, { "english": "She scored the highest points in the game yesterday.", "luganda": "Yafunye obubonero obusinga obungi mu muzannyo jjo." }, { "english": "Their school has been selected to represent our region in the national soccer finals.", "luganda": "Essomero lyabwe lyalondeddwa okukiikirira ekitundu kyaffe mu mpaka z'omupiira ez'eggwanga." }, { "english": "He was accused of oppressing the locals.", "luganda": "Baamulumiriza nti anyigiriza abatuuze." }, { "english": "You cannot drag someone to court without proper evidence.", "luganda": "Tosobola kutwala muntu mu kkooti nga tolina bujulizi bumala." }, { "english": "We have five acres of farmland for growing rice.", "luganda": "Tulina eka z'ettaka ttaano ez'okulimirako omuceere." }, { "english": "Some farmers are selling their rice locally and internationally.", "luganda": "Abalimi abamu omuceere gwabwe bagutunda mu ggwanga ne mu nsi z'ebweru." }, { "english": "She is making a lot of money from her poultry business.", "luganda": "Akola ssente nnyingi mu kulunda enkoko." }, { "english": "There have been many accidents along that road.", "luganda": "Oluguudo olwo luguddeko obubenje bungi." }, { "english": "Some potholes are so deep that they cause unexpected flat tyres.", "luganda": "Ebinnya ebimu biwanvu nnyo ne kiba nti byabya emipiira." }, { "english": "The organization has not improved the roads.", "luganda": "Ekibiina tekikoze ku nguudo." }, { "english": "The road has to be completed within six months.", "luganda": "Oluguudo lulina okumalirizibwa mu myezi mukaaga." }, { "english": "Children should be allowed to play outside to strengthen their bodies.", "luganda": "Abaana basaanidde okukkirizibwa okuzannyira wabweru kigumye emibiri gyabwe." }, { "english": "The children are very friendly with each other.", "luganda": "Abaana baagalana nnyo." }, { "english": "We do not have daycares and nursery schools in our area.", "luganda": "Mu kitundu kyaffe tetulina masomero bazadde gye basobola kusiibya baana bato nnyo na masomero ga nnasale." }, { "english": "That organization represents all its poor clients free of charge in court.", "luganda": "Ekibiina ekyo kikiikirira bakasitoma baakyo bonna abaavu mu kkooti ku bwereere." }, { "english": "The poor people are usually oppressed because they cannot afford to hire lawyers.", "luganda": "Abantu abaavu batera okunyigirizibwa kubanga tebalina ssente zipangisa balooya." }, { "english": "The government pledged to support the kingdom by building a new palace.", "luganda": "Gavumenti yeeyama okuyamba obwakabaka ng'ezimba olubiri olupya." }, { "english": "He was the most important guest at the ceremony.", "luganda": "Ye yali omugenyi omukulu ku mukolo." }, { "english": "The police are investing the recent death of some locals.", "luganda": "Poliisi enoonyereza ku nfa y'abamu ku batuuze abafudde gye buvuddeko awo." }, { "english": "The leaders are looking for a solution to the recent conflicts in the community.", "luganda": "Abakulembeze basala amagezi ag'okugonjoola entalo ezizzeewo mu bantu." }, { "english": "Farmers harvested little food because most of their crops dried up in the drought.", "luganda": "Abalimi bafunye amakungula matono kubanga ebirime byabwe ebisinga obungi byakala mu kyeya." }, { "english": "During his speech about human rights the president condemned child abuse.", "luganda": "Bwe yabadde ayogera ku ddembe ly'obuntu pulezidenti yavumiridde eky'okutulugunya abaana." }, { "english": "Some Ugandans cannot access good hospitals for treatment.", "luganda": "Bannayuganda abamu tebasobola kugenda mu malwaliro amalungi okufuna obujjanjabi." }, { "english": "Nursery schools play an important role in teaching children how to behave in society.", "luganda": "Amasomero ga nnasale gakola kinene mu kuyigiriza abaana engeri y'okweyisaamu mu bantu." }, { "english": "Children's brains are shaped during their first five years therefore they need nursery schools.", "luganda": "Emyaka gy'abaana etaano egisooka gikola kinene nnyo ku bwongo bwabwe n'olwekyo abaana beetaaga amasomero ga nnasale." }, { "english": "The leaders are happy with the new project.", "luganda": "Projekiti empya yasanyusizza nnyo abakulembeze." }, { "english": "Sometimes there are riots after the elections to protest the results.", "luganda": "Oluusi abantu beekalakaasa oluvannyuma lw'okulonda nga bawakanya ebiba bivudde mu kulonda." }, { "english": "Businesses lost their goods which were coming in from the neighboring countries.", "luganda": "Bannabyabusuubuzi baafiiriddwa ebintu byabwe ebibadde biva mu mawanga ag'oku muliraano." }, { "english": "We are trying to find new ways of reaching our target market.", "luganda": "Tunoonya engeri empya ez'okutuusa ebintu ku baguzi." }, { "english": "Despite being young she is pursuing her dream with passion.", "luganda": "Wadde ng'akyali muto akola butaweera okutuuka ku kirooto kye." }, { "english": "He is supported by very famous people because of his talent.", "luganda": "Abantu abatutumufu bamussaamu ssente kubanga alina ekitone." }, { "english": "Some locals lost their land to the construction of the new road.", "luganda": "Abatuuze abamu baafiiriddwa ettaka lyabwe kubanga oluguudo olupya luyita mu ttaka lyabwe." }, { "english": "We lost most of our property in the floods.", "luganda": "Ebintu byaffe ebisinga obungi byagendedde mu mataba." }, { "english": "They request the government to compensate them for the property they lost.", "luganda": "Basaba gavumenti ebaliyirire olw'ebintu bye baafiiriddwa." }, { "english": "The oil mined can be processed into fuel for vehicles.", "luganda": "Amafuta ge basima gasobola okulongoosebwa ne gakozesebwa mu mmotoka." }, { "english": "There has been pollution of the land and poisoning of animals from oil waste.", "luganda": "Ebintu ebiteetaagibwa ebiggibwa mu mafuta byonoonye ettaka era bibadde bya butwa eri ebisolo." }, { "english": "Oil waste has poisons that damage the soil and kill crops.", "luganda": "Ebintu ebiteetaagibwa ebiggibwa mu mafuta birimu obutwa obwonoona ettaka n'ebirime." }, { "english": "The plant is poisonous and can lead to death if eaten.", "luganda": "Ekimera ekyo kya butwa era kisobola okutta omuntu singa akirya." }, { "english": "Many farmers lost their cattle to poisoning.", "luganda": "Abalunzi bangi obutwa bwatta ente zaabwe." }, { "english": "The animals are poisoned upon eating the plant.", "luganda": "Ensolo zifa oluvannyuma lw'okulya ekimera ekyo eky'obutwa." }, { "english": "He was killed with a panga.", "luganda": "Baamuttisa jjambiya." }, { "english": "The murderers should be arrested and charged.", "luganda": "Abatemu basaanidde okukwatibwa bavunaanibwe." }, { "english": "During last year's celebrations the president encouraged everyone to stand up for their rights.", "luganda": "Ku mikolo gy'omwaka oguwedde pulezidenti yakubiriza buli omu okulwanirira eddembe lye." }, { "english": "His wife is an engineer.", "luganda": "Mukyala we yinginiya." }, { "english": "She is interested in standing for district chairperson.", "luganda": "Ayagala kwesimbawo ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti." }, { "english": "She is well qualified for the position.", "luganda": "Atuukiriza ebisaanyizo eby'ekifo ekyo." }, { "english": "Some women are beaten by their husbands.", "luganda": "Abakazi abamu bakubibwa abaami baabwe." }, { "english": "Women are expected to take care of the home and raise the children.", "luganda": "Abakazi basuubirwa okulabirira awaka n'okukuza abaana." }, { "english": "Women and men should have equal opportunities and rights in the community.", "luganda": "Abakazi n'abasajja basaanidde okuyisibwa kyenkanyi." }, { "english": "He won the election for political party president.", "luganda": "Yawangula okulonda kwa pulezidenti w'ekibiina ky'obufuzi." }, { "english": "His win was withdrawn because the elections were rigged.", "luganda": "Okulondebwa kwe kwasazibwamu kubanga mwalimu okubba obululu." }, { "english": "Some locals want him removed from the position of mayor.", "luganda": "Abantu abamu baagala aggibwe ku kifo ky'obwa mmeeya." }, { "english": "The opposition party does not have enough money to oppose the elections.", "luganda": "Ekibiina ky'oludda oluvuganya tekirina ssente zimala kuwakanya byavudde mu kulonda." }, { "english": "He confirmed that the court finds her guilty of murder.", "luganda": "Yakakasa nti kkooti yakizuula nti ye yatta." }, { "english": "Malaria in pregnant women can cause miscarriages.", "luganda": "Omusujja gw'ensiri gusobola okuviirako abakazi okuvaamu embuto." }, { "english": "Pregnant women should sleep under mosquito nets and get treatment when they're sick.", "luganda": "Abakazi abali embuto balina okwebaka mu katimba k'ensiri era balina okufuna obujjanjabi nga balwadde." }, { "english": "Dried seeds last longer that's why most customers prefer them.", "luganda": "Ensigo ezikaze ziwangaala era eyo ye nsonga lwaki bakasitoma ze basinga okwagala." }, { "english": "The company sells high-quality iron sheets.", "luganda": "Amabaati kampuni eyo g'etunda ga mutindo mulungi nnyo." }, { "english": "Some people are being mistreated and oppressed in this country.", "luganda": "Abantu abamu mu nsi eno batulugunyizibwa era banyigirizibwa." }, { "english": "The army attacked and killed many innocent locals last month.", "luganda": "Omwezi oguwedde amagye gaalumba era ne gatta abantu bangi abatalina musango." }, { "english": "Some government officials have been accused of taking bribes.", "luganda": "Abakozi ba gavumenti abamu balumirizibwa olw'okulya enguzi." }, { "english": "There have been many cases of fraud in that organization.", "luganda": "Wabaddewo obulyake bungi mu kibiina ekyo." }, { "english": "He is a very strong and capable leader.", "luganda": "Mukulembeze wa maanyi era alina obusobozi." }, { "english": "Some candidates withdrew from the presidential race to support him.", "luganda": "Abavuganya abamu baavudde mu lwokaano lw'okwesimbawo ku ntebe y'obwa pulezidenti basobole okumuwagira." }, { "english": "By the end of the campaigns he had lost all hope of winning the election.", "luganda": "Kampeyini we zaggwerako yali takyalina ssuubi lyonna lya kuwangula kalulu." }, { "english": "We evaluate his performance in the campaigns.", "luganda": "Twetegereza engeri gy'akolamu mu kampeyini." }, { "english": "The government should allocate more money for the anti-corruption task force.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okwongera ssente mu kakiiko akalwanyisa obulyi bw'enguzi." }, { "english": "The organization does not have money to support its employees in their duties.", "luganda": "Ekibiina tekirina ssente kuwagira bakozi baakyo nga bakola emirimu gyabwe." }, { "english": "The government has released funds for the construction of a new power plant.", "luganda": "Gavumenti ewaddeyo ssente ez'okuzimba ekkolero ly'amasannyalaze eppya." }, { "english": "The two companies have partnered to work together on the new project.", "luganda": "Kampuni ebbiri zigenda kukolera wamu projekiti eyo empya." }, { "english": "The new power station will generate a lot of electricity for the country.", "luganda": "Ekkolero ly'amasannyalaze eppya lijja kuvaamu amasannyalaze mangi agajja okukozesebwa mu ggwanga." }, { "english": "The airport stopped working ten years ago.", "luganda": "Ekisaawe ky'ennyonyi kyalekera awo okukola emyaka kkumi emabega." }, { "english": "The remains of the aeroplane from the accident were buried.", "luganda": "Ebisigalira by'ennyonyi eyagwa ku kabenje byaziikibwa." }, { "english": "The government does not have money to rebuild the airport.", "luganda": "Gavumenti terina ssente zizzaawo kisaawe kya nnyonyi." }, { "english": "The police have refused to leave his home.", "luganda": "Abapoliisi balemedde mu maka ge." }, { "english": "He is the top opposition leader in the country.", "luganda": "Ye w'oludda oluvuganya gavumenti asinga amaanyi." }, { "english": "The court ordered the police officers to withdraw back to their barracks.", "luganda": "Kkooti yalagira abapoliisi okuddayo mu bbalakisi yaabwe." }, { "english": "Many police officers were surrounding his home this morning.", "luganda": "Abapoliisi bangi baabadde beebunguludde amaka ge ku nkya ya leero." }, { "english": "Many locals have started putting up small businesses to support their families.", "luganda": "Abatuuze bangi batandise okussaawo bubizineesi obutono okuyimirizaawo ab'omu maka gaabwe." }, { "english": "Constructing good roads in the country eases the movement of tourists around the country.", "luganda": "Okuzimba enguudo ennungi kisobozesa abalambuzi okwanguyirwa okutuuka mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu." }, { "english": "He traveled to the neighboring country for the ceremony.", "luganda": "Yagenze ku mukolo mu ggwanga ery'oku muliraano." }, { "english": "Some of the people living in villages cannot afford basic needs like food.", "luganda": "Abantu abamu ababeera mu byalo tebasobola kwetuusaako byetaago bya bulamu gamba ng'emmere." }, { "english": "We save our money throughout the year and can only receive it in December.", "luganda": "Tutereka ssente zaffe omwaka gwonna naye tusobola kuzifuna mu Ddesemba mwokka." }, { "english": "Some locals have set up savings groups within themselves because banks are far.", "luganda": "Abatuuze abamu beekozeemu omulimu ne beetandikirawo ebibiina ebitereka ssente kubanga bbanka ziri wala." }, { "english": "He was presented in front of the judge this afternoon.", "luganda": "Yaleeteddwa mu maaso g'omulamuzi olweggulo lwa leero." }, { "english": "I spent six hours watching what was going on in the court.", "luganda": "Nnamala essaawa mukaaga nga ndaba ebigenda mu maaso mu kkooti." }, { "english": "He gave us the details of his trip.", "luganda": "Yatubuulira ebikwata ku lugendo lwe." }, { "english": "Most traders prefer to buy their goods from abroad.", "luganda": "Abasuubuzi abamu baagala nnyo okugula ebintu eby'okutunda okuva mu mawanga ag'ebweru." }, { "english": "The country has a huge debt to pay.", "luganda": "Eggwanga lirina ebbanja ddene." }, { "english": "Tourism is one of the fastest-growing sectors in the country.", "luganda": "Eby'obulambuzi bikulira ku sipiidi mu ggwanga." }, { "english": "He changed his mind about retiring from politics.", "luganda": "Yakyusa ekirowoozo kye yalina eky'okuwummula eby'obufuzi." }, { "english": "Some locals nominated him for the position of village chairperson.", "luganda": "Abatuuze abamu baamusemba ku bwa ssentebe bw'ekyalo." }, { "english": "He did not keep his promise to his voters.", "luganda": "Teyatuukiriza kye yasuubiza abalonzi." }, { "english": "He was summoned to court because of the attacks his team made on the locals.", "luganda": "Yayitibwa yennyonnyoleko mu kkooti olw'abantu be okulumba abatuuze." }, { "english": "He could not attend the meeting because he is sick.", "luganda": "Tasobodde kubaawo mu lukungaana olw'okuba mulwadde." }, { "english": "Some drunkards lose their tempers and beat their wives at home.", "luganda": "Abatamiivu abamu bavaako waya ne bakuba bakazi baabwe." }, { "english": "Some youth spend most of their time and money on alcohol.", "luganda": "Abavubuka abamu ebiseera byabwe ebisinga obungi ne ssente babimalira ku mwenge." }, { "english": "The organization will help victims of abusive marriages to get counseling.", "luganda": "Ekibiina kijja kuyamba abatulugunyizibwa mu bufumbo okubudaabudibwa." }, { "english": "The police fired bullets to scare the rioters.", "luganda": "Poliisi yakubye amasasi okutiisatiisa abeekalakaasi." }, { "english": "Locals should build fifty feet from the road to facilitate the road reserve.", "luganda": "Abantu balina okuzimba nga beesudde oluguudo fuuti ataano okulekawo lizaavu y'oluguudo." }, { "english": "Some police officers mercilessly beat anyone they find moving on the streets at night.", "luganda": "Abapoliisi abamu bakuba bukubi awatali kusaasira omuntu yenna gwe basanga ng'atambula mu kkubo ekiro." }, { "english": "He did not show up at the court.", "luganda": "Teyalabiseeko mu kkooti." }, { "english": "He sent representatives to the meeting because he was busy.", "luganda": "Yasindise abaamukiikiridde mu lukungaana kubanga yabadde n'eby'okukola bingi." }, { "english": "The bank is giving free airtime to any customer who opens a new account.", "luganda": "Bbanka egabira eyatayimu buli muntu aggulawo akawunta empya." }, { "english": "Customers can send and receive money directly through their phones.", "luganda": "Bakasitoma basobola okusindika n'okufuna ssente okuyitira ku ssimu zaabwe." }, { "english": "The country welcomes new businesses because they bring in money through taxes.", "luganda": "Eggwanga lyaniriza bizineesi empya kubanga zivaamu ssente okuyitira mu misolo." }, { "english": "She opened up another poultry shop in the neighboring country.", "luganda": "Yatandikawo edduuka eddala eritunda enkoko mu ggwanga eriri ku muliraano." }, { "english": "The organization has very few customers.", "luganda": "Ekibiina kirina bakasitoma batono nnyo." }, { "english": "Very few Ugandans can afford to save money for the future.", "luganda": "Bannayuganda batono nnyo abasobola okutereka ssente ez'okukozesa mu biseera eby'omu maaso." }, { "english": "My mother was among those who died in the attack last year.", "luganda": "Maama wange y'omu ku baafiira mu bulumbaganyi omwaka oguwedde." }, { "english": "There was a lot of bloodshed during the riot.", "luganda": "Waaliwo okuyiwa omusaayi mungi mu kwekalakaasa." }, { "english": "The election was postponed because some of the candidates were sick.", "luganda": "Okulonda kwayongezebwayo olw'okuba abamu ku baali beesimbyewo baali balwadde." }, { "english": "The constitution instructs that all elections should be free and fair.", "luganda": "Ssemateeka agamba nti okulonda kwonna kulina okuba okw'amazima n'obwenkanya." }, { "english": "The elections will be held on Friday.", "luganda": "Okulonda kujja kubaawo ku Lwokutaano." }, { "english": "No journalist is allowed to report on the case.", "luganda": "Tewali munnamawulire akkirizibwa kwogera ku musango ogwo." }, { "english": "Journalists should strictly follow the rules of the Court.", "luganda": "Bannamawulire basaanidde okugoberera butiribiri amateeka ga kkooti." }, { "english": "Many people lost their loved ones in the attack last month.", "luganda": "Abantu bangi baafiirwa abaagalwa baabwe mu bulumbaganyi obwaliwo omwezi oguwedde." }, { "english": "There were bullets fired all over the place.", "luganda": "Baakuba amasasi mangi mu kitundu kyonna." }, { "english": "He arrived at the airport this morning.", "luganda": "Yatuuse ku kisaawe ku maka ga leero." }, { "english": "He encouraged more people to start small businesses to sustain themselves.", "luganda": "Yakubirizza abantu bangi okutandikawo bizineesi entonotono basobole okweyimirizaawo." }, { "english": "He owns a very large business.", "luganda": "Alina bizineesi nnene nnyo." }, { "english": "The president recommended commercial farming as one of the best businesses.", "luganda": "Pulezidenti yakubirizza abantu okwenyigira mu nnima eya bizineesi olw'okuba nti ye bizineesi esingayo obulungi." }, { "english": "Uganda is a good country for one to start a business.", "luganda": "Uganda nsi nnungi ey'okutandikiramu bizineesi." }, { "english": "Some industries sell their products abroad instead of selling to the locals.", "luganda": "Amakolero agamu ebintu bye gakola gabitunda mu nsi za bweru mu kifo ky'okubitunza abantu abali mu ggwanga." }, { "english": "He is a very rich man.", "luganda": "Musajja mugagga nnyo." }, { "english": "He has never been found ever since he disappeared from his shop two months ago.", "luganda": "Tebamuzuulanga bukya abulawo okuva mu dduuka lye emyezi ebiri emabega." }, { "english": "There are many unmarked graves in that area.", "luganda": "Waliwo amalaalo mangi agatalambiddwa mu kitundu ekyo." }, { "english": "The organization is installing water pipes around the village.", "luganda": "Ekibiina kissa payipu z'amazzi mu bitundu by'ekyalo ebitali bimu." }, { "english": "My little sister was kidnapped from school yesterday.", "luganda": "Muganda wange omuto baamuwambidde ku ssomero jjo." }, { "english": "There is no evidence that he beat his wife.", "luganda": "Tewali bukakafu bulaga nti yakubye mukyala we." }, { "english": "Some witnesses do not narrate the incidents clearly and end up confusing everyone.", "luganda": "Abajulizi abamu tebamanyi kuluka bulungi mboozi n'ekivaamu batabula buli omu." }, { "english": "The witness said that she saw him shoot the deceased last week.", "luganda": "Omujulizi yagambye nti yamulaba ng'akuba amasasi omugenzi wiiki ewedde." }, { "english": "The guidelines for the campaigns have not been released.", "luganda": "Ebiragiro eby'okugoberera mu kiseera ky'okulonda tebinnafulumizibwa." }, { "english": "She was criticized for making losses in the company.", "luganda": "Baamulumiriza olw'okufiiriza kampuni ssente." }, { "english": "Some traders are operating their businesses without licenses.", "luganda": "Abasuubuzi abamu bakola bizineesi nga tebalina layisinsi." }, { "english": "The deadline for the registration of businesses has been extended by a month.", "luganda": "Nsalesale ow'okuwandiisa bizineesi ayongezeddwayo omwezi mulamba." }, { "english": "Most electronics shops in the city are owned by Indians.", "luganda": "Amaduuka g'amasimu ne kompyuta agasinga obungi mu kibuga ga Bayindi." }, { "english": "All foreigners need licenses to operate businesses in this country.", "luganda": "Abagwira bonna balina okuba ne layisinsi okusobola okukola bizineesi mu ggwanga." }, { "english": "The organization has details of all registered businesses in the country.", "luganda": "Ekibiina kirina byonna ebikwata ku bizineesi empandiise eziri mu ggwanga." }, { "english": "The trial has been postponed to next month.", "luganda": "Okuwozesebwa kwongezeddwayo okutuusa omwezi ogujja." }, { "english": "He shot her in the head.", "luganda": "Yamukuba essasi ku mutwe." }, { "english": "His murder case is too big to be handled by our village court.", "luganda": "Omusango gw'obutemu gwe yazza munene ne kiba nti tegusobola kuwulirwa kkooti ya kyalo." }, { "english": "The football match was postponed because of the heavy rain.", "luganda": "Omupiira gwayongezeddwayo olw'enkuba." }, { "english": "He is nearing the end of his speech.", "luganda": "Anaatera okumaliriza okwogera." }, { "english": "I was part of the Kabaka's run last year.", "luganda": "Nneenyigira mu misinde gya kabaka omwaka oguwedde." }, { "english": "There were many participants in the race.", "luganda": "Abantu bangi beenyigira mu misinde egyo." }, { "english": "People who do not exercise are lazier than those who do.", "luganda": "Abantu abatakola dduyiro baba banafu okusinga abo abamukola." }, { "english": "Exercise is good as it strengthens the body to fight diseases like diabetes.", "luganda": "Dduyiro mulungi kubanga awa omubiri amaanyi okulwanyisa endwadde gamba ng'obulwadde bwa ssukaali." }, { "english": "Nursery schools train children on how to behave in primary school.", "luganda": "Amasomero ga nnasale gatendeka abaana ne bamanya engeri y'okweyisaamu nga batuuse mu pulayimale." }, { "english": "Nursery schools allow children to play with their peers and build their confidence.", "luganda": "Amasomero ga nnasale gasobozesa abaana okuzannya ne bato bannaabwe ne baggwaamu okwetya." }, { "english": "Nursery schools and daycares provide an environment for children to explore without parents' guidance.", "luganda": "Amasomero ga nnasale n'ago awakuumirwa abaana abato ennyo gasobozesa abaana okumanyiira okubaawo nga tebali na bazadde baabwe." }, { "english": "He did not win the award because he lost in the final match.", "luganda": "Teyawangudde kirabo kubanga yawanguddwa mu mpaka ez'akamalirizo." }, { "english": "He was the best player this season.", "luganda": "Ye muzannyi asinze okuzannya obulungi sizoni eno." }, { "english": "He scored the winning goal for his team.", "luganda": "Yateebedde ttiimu ye goolo ey'obuwanguzi." }, { "english": "He has been struggling to pay school fees for his children.", "luganda": "Tekimubeeredde kyangu kufuna ssente za bisale bya ssomero eby'abaana be." }, { "english": "He was fired from four different jobs in just six months.", "luganda": "Yagobwa ku mirimu ena egy'enjawulo mu myezi mukaaga gyokka." }, { "english": "He has been making more money from his business.", "luganda": "Ssente z'akola mu bizineesi ye zeeyongedde." }, { "english": "Some vendors do not have any records about their business at all.", "luganda": "Abasuubuzi abamu tebalina kiwandiiko kyonna kikwata ku bizineesi yaabwe." }, { "english": "She supplies chicken to three restaurants in the area.", "luganda": "Atwalira ebirabo by'emmere bisatu mu kitundu kye enkoko." }, { "english": "He narrated the details from the ceremony.", "luganda": "Yalambuludde ku byabadde ku mukolo." }, { "english": "Fewer tourists are coming into the country because of the rebel attack.", "luganda": "Abalambuzi abajja mu ggwanga bakendedde olw'obulumbaganyi bw'abayeekera." }, { "english": "The hotel lost a lot of money because the guests did not show up.", "luganda": "Wooteeri yafiiriddwa ssente nnyingi kubanga abagenyi tebazze." }, { "english": "The country receives more tourists in December.", "luganda": "Abalambuzi baba bangi mu ggwanga mu mwezi gwa Ddesemba." }, { "english": "She lost her two children in the attack.", "luganda": "Abaana be babiri baafiira mu bulumbaganyi." }, { "english": "The two leaders should have discussed their issues with each other instead of fighting.", "luganda": "Abakulembeze ababiri bandibadde batuula ne boogera ku nsonga zaabwe mu kifo ky'okulwana." }, { "english": "Everybody wants to pray from the new church.", "luganda": "Buli omu ayagala okusabira mu kkanisa empya." }, { "english": "The priest encouraged the church to maintain peace with its neighbors.", "luganda": "Omubuulizi yakubirizza abagoberezi okukuuma emirembe ne baliraanwa baabwe." }, { "english": "Forgiving those who wrong you helps you to heal from the pain.", "luganda": "Okusonyiwa abo abaakuyisa obubi kikuyamba okuwona obulumi bw'olina ku mutima." }, { "english": "Some of the dead bodies were too burnt to be identified.", "luganda": "Emirambo egimu gyali gyokeddwa nnyo nga kizibu n'okugitegeera." }, { "english": "She was buried in her father's village.", "luganda": "Yaziikibwa ku kyalo kya kitaawe." }, { "english": "Some locals do not obey the government laws.", "luganda": "Abatuuze abamu tebagondera mateeka ga gavumenti." }, { "english": "He was voted best footballer of the year.", "luganda": "Yalondebwa ng'omuzannyi asinze okusamba omupiira mu mwaka." }, { "english": "The winner of the dancing competition received a brand new car.", "luganda": "Eyawangula empaka z'okuzina yaweebwa emmotoka kapyata." }, { "english": "She complained that her brother receives more attention and gifts from their parents.", "luganda": "Yeemulugunya nti muganda we omulenzi bazadde baabwe baamufangako nnyo era baamuwanga ebirabo bingi okusinga ye omuwala." }, { "english": "According to him some fathers neglect their responsibilities towards their children.", "luganda": "Yagamba nti bataata abamu balagajjalira obuvunaanyizibwa bwabwe eri abaana baabwe." }, { "english": "She commented about the poor performance of the students during the meeting.", "luganda": "Mu lukungaana yayogera ku ky'okuba nti abayizi baakola bubi." }, { "english": "Some of those who were arrested are innocent.", "luganda": "Abamu ku abo abaakwatibwa tebaalina musango." }, { "english": "Some prisoners are being mistreated in jail.", "luganda": "Abasibe abamu batulugunyizibwa mu kkomera." }, { "english": "The attackers broke her hand and leg.", "luganda": "Abazigu baamenye omukono gwe n'okugulu." }, { "english": "My father was killed in the attack.", "luganda": "Taata wange yafiira mu bulumbaganyi." }, { "english": "She spoke with one of the farmers who lost their crops in the flood.", "luganda": "Yayogerako n'omu ku balimi abaafiirwa ebirime byabwe mu mataba." }, { "english": "That family is suffering from poverty as they cannot even afford food.", "luganda": "Ab'omu maka ago baavu nnyo ne kiba nti tebasobola na kugula mmere." }, { "english": "He was arrested for disobeying the president's orders.", "luganda": "Baamukwata olw'okujeemera ebiragiro bya pulezidenti." }, { "english": "The children would not have fought if they had both got the same presents.", "luganda": "Abaana tebandirwanye singa baaweereddwa ebirabo bye bimu." }, { "english": "The team of soldiers was separated into four.", "luganda": "Ekibinja ky'abasirikale kyagabanyiziddwamu emirundi ena." }, { "english": "He has hired more security guards for his home.", "luganda": "Ayongedde ku bakuumi abakuuma amaka ge." }, { "english": "In our company if you are caught receiving a bribe you are fired immediately.", "luganda": "Mu kampuni yaffe bwe bakukwata ng'olya enguzi bakugoberawo." }, { "english": "Some government officials ask for money from clients before working on them.", "luganda": "Abakozi ba gavumenti abamu basaba abantu ssente nga tebannabakolako." }, { "english": "The government has discovered that the locals started the fight with the police.", "luganda": "Gavumenti ekizudde nti abatuuze be baasosonkerezza poliisi." }, { "english": "He has the details about how the campaigns are running in some districts.", "luganda": "Alina kalonda akwata ku ngeri kampeyini gye zitambulamu mu disitulikiti ezimu." }, { "english": "The report she submitted about the life of the locals was a total lie.", "luganda": "Alipoota gye yawaddeyo ku mbeera y'abatuuze si ntuufu." }, { "english": "The army attacked our village and burnt our farms.", "luganda": "Amagye gaalumbye ekyalo kyaffe ne gookya ennimiro zaffe." }, { "english": "The army continues to attack the locals even if they are innocent.", "luganda": "Amagye geeyongera okulumba abatuuze wadde nga tebalina musango." }, { "english": "My brother is one of the officers who retired this year.", "luganda": "Muganda wange y'omu ku basirikale abaawumudde omwaka guno." }, { "english": "Some retired police officers join rebel groups to make quick money.", "luganda": "Abapoliisi abamu abaawummula beegatta ku bayeekera okukola ssente ez'amangu." }, { "english": "Some farmers do not have enough money to support their farms.", "luganda": "Abalimi abamu tebalina ssente zimala kuyimirizaawo ba mu maka gaabwe." }, { "english": "Some banks charge high interest rates on loans.", "luganda": "Bbanka ezimu zisaba amagoba mangi ku ssente ze ziwola abantu." }, { "english": "The farmers can now access most services of the bank on their phones.", "luganda": "Abalimi kati basobola okufuna empeereza za bbanka ezisinga obungi okuyitira ku masimu gaabwe." }, { "english": "We have a football match on Saturday.", "luganda": "Tulinayo omupiira ku Lwomukaaga." }, { "english": "The team needs money to support them during the competitions.", "luganda": "Ttiimu yeetaaga ssente ez'okukozesa mu kiseera ky'empaka." }, { "english": "My uncle topped up my school fees.", "luganda": "Kojja wange yannyongerezaako ku fiizi z'essomero." }, { "english": "Your father is doing the best he can to make you happy.", "luganda": "Taata wo akola kyonna ekisoboka okukusanyusa." }, { "english": "My mother is a retired primary school teacher.", "luganda": "Maama wange yali musomesa wa pulayimale." }, { "english": "How much balance did you remain with after the shopping?", "luganda": "Wasigazza ssente mmeka oluvannyuma lw'okugula ebintu ?" }, { "english": "Her voice was low.", "luganda": "Eddoboozi lye lyabadde wansi." }, { "english": "He explained to his son about his financial situation.", "luganda": "Yannyonnyola mutabani we ku mbeera ye ey'eby'enfuna." }, { "english": "She is expecting her pension very soon.", "luganda": "Asuubira okufuna akasiimo ke mu kiseera ekitali kya wala." }, { "english": "Her presence did not make any difference.", "luganda": "Okubeerawo kwe tekulina kye kwakolawo." }, { "english": "Banana wilt destroyed at least three-quarters of the plantations.", "luganda": "Akawuka akalya amatooke kaayonoona kumpi ebitundu bisatu bya kuna eby'ensuku z'amatooke." }, { "english": "She shook her head in disagreement.", "luganda": "Yanyeenya omutwe gwe okulaga nti takkiriziganya nakyo." }, { "english": "Where are you going to get that much money?", "luganda": "Wa gy'ogenda okuggya ssente ennyingi bw'ezityo?" }, { "english": "Your father is always smart.", "luganda": "Buli kiseera taata wo aba ayambadde bulungi." }, { "english": "His name has two different spellings.", "luganda": "Erinnya lye liwandiikibwa mu ngeri bbiri ez'enjawulo." }, { "english": "Ministry of Agriculture helps farmers in different ways.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulimi kiyamba abalimi mu ngeri ez'enjawulo." }, { "english": "There was an outbreak of Ebola in the country.", "luganda": "Waabalukawo ekirwadde kya Ebola mu ggwanga." }, { "english": "What are some of the diseases that affect banana plantations?", "luganda": "Obumu ku bulwadde bw'ebitooke bwe buliwa?" }, { "english": "He got a loan of five million shillings.", "luganda": "Yeewola obukadde butaano." }, { "english": "When do you need the money?", "luganda": "Ssente ozeetaaga ddi?" }, { "english": "Students will not be allowed to register unless they have paid full tuition.", "luganda": "Abayizi tebajja kukkirizibwa kwewandiisa okuggyako nga bamazeeyo ebisale by'essomero byonna." }, { "english": "What is the date today?", "luganda": "Leero ennaku z'omwezi ziri mmeka?" }, { "english": "I want you to pay my money by Friday this week.", "luganda": "Olwokutaano lwa wiiki eno we lutuukira njagala obe ng'ompadde ssente zange." }, { "english": "I wish you had told me about your visit earlier.", "luganda": "Singa wali ongambyeko nga bukyali nti ojja kunkyalira." }, { "english": "Money is so scarce especially during this pandemic season.", "luganda": "Ssente zibuze nnyo nnaddala mu kiseera kino eky'ekirwadde." }, { "english": "The banana plantation owners in the Masaka district have a savings and credit cooperative organization.", "luganda": "Abalimi b'amatooke mu disitulikiti y'e Masaka balina ekibiina mwe batereka era mwe beewola ssente." }, { "english": "He has unlimited credit.", "luganda": "Aterese ssente nnyingi." }, { "english": "Some financial institutions lend to their customers at high rates.", "luganda": "Ebitongole by'ensimbi ebimu biwola bakasitoma baabyo ssente nga bitaddeko amagoba mangi." }, { "english": "Why are you over staring at me?", "luganda": "Lwaki ontunuulira nnyo?" }, { "english": "He makes fun of his friend.", "luganda": "Ajerega mukwano gwe." }, { "english": "Everyone has their problems to solve.", "luganda": "Buli omu alina ebizibu bye eby'okukolako." }, { "english": "She promised to give me a call in an hour.", "luganda": "Yasuubizza okunkubirako mu ssaawa emu." }, { "english": "Why are you thanking me?", "luganda": "Lwaki onneebaza?" }, { "english": "There is no hope of him getting that money in four days.", "luganda": "Tewali ssuubi lyonna nti ajja kufuna ssente ezo mu nnaku nnya." }, { "english": "He wears a rosary on his neck every day.", "luganda": "Ayambala ssapule mu bulago buli lunaku." }, { "english": "She is always wearing her necklace.", "luganda": "Buli kaseera aba ayambadde nekireesi." }, { "english": "The prince married a virgin girl.", "luganda": "Omulangira yawasa omuwala embeerera." }, { "english": "God is full of grace.", "luganda": "Katonda ajjudde ekisa." }, { "english": "Why were the women murmuring?", "luganda": "Lwaki abakazi babadde beemulugunya?" }, { "english": "The garden was covered with fertilizers.", "luganda": "Ennimiro baagibikka ebigimusa." }, { "english": "My grandmother requested me to stay a little longer at her place.", "luganda": "Jjajja wange omukazi yansaba okugira nga mbeerako ewuwe." }, { "english": "I do not want to be late for work.", "luganda": "Saagala kutuuka kikeerezi ku mulimu." }, { "english": "He fastened his towel around the waist and headed to the bathroom.", "luganda": "Yeesiba tawulo mu kiwato n'agenda mu kinaabiro." }, { "english": "Does she know how to drive?", "luganda": "Amanyi okuvuga emmotoka?" }, { "english": "Some taxi drivers in Uganda do not respect traffic guidelines.", "luganda": "Abavuzi ba takisi abamu mu Uganda tebagoberera mateeka ga ku nguudo." }, { "english": "He thinks the existence of combs is an inconvenience.", "luganda": "Alowooza nti okusunsula kuba kumala biseera." }, { "english": "The man has a very bushy beard.", "luganda": "Ekirevu ky'omusajja oyo kikuze nnyo." }, { "english": "His shirt collar edges were dirty.", "luganda": "Ekitogi ky'essaati ye kyali kiddugala." }, { "english": "The traffic officers in Uganda no longer put on a white uniform.", "luganda": "Abasirikale b'oku nguudo tebakyayambala byambalo byeru." }, { "english": "What is the role of traffic officers on the road?", "luganda": "Obuvunaanyizibwa bw'abasirikale b'oku nguudo bwe buliwa?" }, { "english": "My father hired a personal driver.", "luganda": "Taata wange yapangisa dereeva owuwe ku bubwe." }, { "english": "I prefer traveling by minibus to a taxi.", "luganda": "Njagala nnyo okutambulira mu mini bbaasi mu kifo kya takisi." }, { "english": "Do we need traffic officers on the road?", "luganda": "Ddala twetaaga abasirikale ku nguudo?" }, { "english": "The digital clock on your dashboard is flashing.", "luganda": "Essaawa eri ku ddaasiboodi yo emyansa." }, { "english": "He stepped on the brake pedal to let the taxi guy into the lane.", "luganda": "Yasibyemu asobole okukkiriza owa takisi okuyingira mu layini ." }, { "english": "Indisciplined drivers cause accidents on the road.", "luganda": "Badereeva abatalina mpisa baleeta obubenje ku nguudo." }, { "english": "You look like you did not sleep at all.", "luganda": "Olabika ng'ataakombye ku ttulo." }, { "english": "After the compliment he just shook his head and smiled.", "luganda": "Bwe baamaze okumuwaana yanyeenyeza ku mutwe n'amwenya." }, { "english": "She did not sleep last night because she had a lot of work to do.", "luganda": "Teyeebase kiro kubanga yabadde n'eby'okukola bingi." }, { "english": "Problems never end is it true?", "luganda": "Ddala kituufu nti ebizibu tebikoma?" }, { "english": "The company has a blue-white logo.", "luganda": "Kampuni erina akabonero aka langi ya bbulu n'enjeru." }, { "english": "What is the motto of your school?", "luganda": "Omubala gw'essomero lyo gwe guliwa?" }, { "english": "A single guy like you should not have problems.", "luganda": "Omuvubuka nga ggwe atannawasa tasaanidde kuba na bizibu." }, { "english": "He is married with a five year old daughter.", "luganda": "Mufumbo era alina n'omwana omuwala wa myaka ettaano." }, { "english": "Being unmarried does not mean that he does not have any responsibilities.", "luganda": "Okuba nti si mufumbo tekitegeeza nti talina buvunaanyizibwa bwonna." }, { "english": "How is your grandmother?", "luganda": "Jjajjaawo ali atya?" }, { "english": "For how long have you been friends?", "luganda": "Mumaze bbanga lyenkana wa nga muli ba mukwano?" }, { "english": "He does not look fine.", "luganda": "Talabika bulungi." }, { "english": "The twins are going for their last semester at the university.", "luganda": "Abalongo bagenda mu semisita yaabwe esembayo ku yunivasite." }, { "english": "By Friday all the bills will be paid.", "luganda": "Olwokutaano we lunaatuukira ebisale byonna bijja kuba bimaze okusasulwa." }, { "english": "He asked me to lend him five million Ugandan shillings only.", "luganda": "Yansaba muwole ssente za Uganda obukadde butaano." }, { "english": "I just paid my daughter’s school fees.", "luganda": "Mbadde nnaakasasula fiizi za muwala wange." }, { "english": "That nursery school is actually expensive.", "luganda": "Essomero lya nnasale eryo lya bbeeyi." }, { "english": "I wonder how much my parents have spent on my education till university.", "luganda": "Nneebuuza ssente mmeka bazadde bange ze bamalidde ku buyigirize bwange okuva lwe nnatandika okusoma okutuusa bwe ntuuse ku yunivasite." }, { "english": "The two graduated in the same year.", "luganda": "Ababiri abo baatikkirwa mu mwaka gwe gumu." }, { "english": "He is a sales executive at a local insurance firm.", "luganda": "Kitunzi mu kitongole kya yinsuwa ekimu." }, { "english": "She is planning to quit her job.", "luganda": "Ateekateeka kulekulira mulimu gwe." }, { "english": "Many people do not have much money to spare.", "luganda": "Abantu bangi tebalina ssente nnyingi za kutereka." }, { "english": "When will the next school term begin?", "luganda": "Taamu y'essomero eddako enneetandika ddi?" }, { "english": "He is your colleague at work.", "luganda": "Mukozi munno ku mulimu." }, { "english": "He runs an underground money lending business.", "luganda": "Addukanya bizineesi ewola ssente mu nkukutu." }, { "english": "He is not as bad as the other money lenders around town.", "luganda": "Si mubi bw'omugeraageranya ku bawozi ba ssente abalala abali mu kibuga." }, { "english": "Some people get fatal accidents because of failing to pay their debts in time.", "luganda": "Abantu abamu bagwa ku bubenje obubaviirako okufa olw'okuba balemererwa okusasula amabanja gaabwe mu budde." }, { "english": "We have never had anything bad about him.", "luganda": "Tetumuwulirangako kintu kibi." }, { "english": "There is a certain procedure to follow when borrowing money from the bank.", "luganda": "Waliwo enkola erina okugobererwa nga weewola ssente mu bbanka." }, { "english": "Where do you work from?", "luganda": "Okolera wa?" }, { "english": "He interrupted the ceremony.", "luganda": "Yagootaanya omukolo." }, { "english": "We no longer have any problem with her.", "luganda": "Tetukyamulinako buzibu." }, { "english": "Her in-laws are dangerous people.", "luganda": "Ab'enganda za bba si bantu bangu." }, { "english": "The tenant was jailed for failing to pay his five months’ rent.", "luganda": "Omupangisa baamusiba olw'okulemererwa okusasula emyezi gy'ennyumba ettaano." }, { "english": "He believes that he will get the money next month.", "luganda": "Asuubira okufuna ssente omwezi ogujja." }, { "english": "Describe a lifeless face to you.", "luganda": "Oyinza kunnyonnyola otya obwenyi bw'omufu." }, { "english": "The deceased was placed in a white coffin.", "luganda": "Omufu baamutadde mu ssanduuko njeru." }, { "english": "The twins were just two years old when she died.", "luganda": "Abalongo baalina emyaka ebiri gyokka we yafiira." }, { "english": "Please help her if you can.", "luganda": "Bambi muyambe bw'oba osobola." }, { "english": "At what time does the bank close?", "luganda": "Bbanka eggalawo ku ssaawa mmeka?" }, { "english": "Let me go see him before the boss gets here.", "luganda": "Ka ngende mmulabe nga mukama waffe tannajja." }, { "english": "I kept thinking about her yesterday.", "luganda": "Nnamulowoozezzaako nnyo jjo." }, { "english": "She fears her boss.", "luganda": "Atya mukama we." }, { "english": "Do not forget the boss wants the field report.", "luganda": "Teweerabira nti mukama waffe yeetaaga alipoota." }, { "english": "Shut the door to the small office.", "luganda": "Ggalawo oluggi oluyingira mu ofiisi entono." }, { "english": "He saved most of his work on the flash disk.", "luganda": "Emirimu gye egisinga obungi yagitereka ku fulaasi." }, { "english": "His office is at the end of the corridor.", "luganda": "Ofiisi ye esangibwa ku nkomerero y'olukuubo." }, { "english": "Someone is knocking at the door.", "luganda": "Waliwo akonkona ku luggi." }, { "english": "His voice was loud enough for everyone to hear.", "luganda": "Eddoboozi lye lyabadde waggulu nga buli omu asobola okumuwulira." }, { "english": "My bedroom door has a silver handle.", "luganda": "Oluggi lw'oku kisenge kyange luliko omunyolo gwa ffeeza." }, { "english": "He wiped his hands on the sides of his trousers.", "luganda": "Engalo ze yazisiimuula ku mpale ye." }, { "english": "Turn the door handle with both hands.", "luganda": "Nnyoola omunyolo gw'oluggi ng'okozesa emikono gyombi." }, { "english": "She did not fall into their trap.", "luganda": "Teyagwa mu katego kaabwe." }, { "english": "Why do you only remember me in hard times?", "luganda": "Lwaki onzijukira mu biseera bizibu byokka?" }, { "english": "How can such a small man have so much power?", "luganda": "Omusajja omutono bw'atyo ayinza atya okuba n'amaanyi mangi bwegatyo?" }, { "english": "Is it ok if I borrow your shoes?", "luganda": "Osobola okunjazika ku ngatto zo?" }, { "english": "At what rate did you attain the loan?", "luganda": "Ssente ze weewoze baazitaddeko magoba genkana wa?" }, { "english": "The economy in the country is at its downfall.", "luganda": "Eby'enfuna mu ggwanga bisebengerera." }, { "english": "He got a loan at a relatively fair rate.", "luganda": "Baamuwadde ebbanja ku magoba amatonoko." }, { "english": "The light in his office is dim.", "luganda": "Amataala mu ofiisi ye gaaka mpola." }, { "english": "You need to have a calculator while doing a math exam.", "luganda": "Olina okuba ne kalukyuleeta ng'okola ekigezo ky'okubala." }, { "english": "Let us see who is better at dancing.", "luganda": "Ka tulabe ani asinga okuzina." }, { "english": "He has only five thousand shillings in his pocket.", "luganda": "Mu nsawo ye alinamu enkumi ttaano zokka." }, { "english": "I think in three months my business will be established.", "luganda": "Ndowooza nti mu myezi esatu bizineesi yange ejja kuba eggumidde." }, { "english": "It's been six months ever since they got married.", "luganda": "Kati wayise emyezi mukaaga bukya bafumbirwa." }, { "english": "How do you run your business?", "luganda": "Oddukanya otya bizineesi yo?" }, { "english": "The nurse put her hands around my neck to feel my body temperature.", "luganda": "Omusawo yassa engalo ze ku nsingo yange okuwulira ebbugumu ly'omubiri gwange." }, { "english": "Her rosary is green in color.", "luganda": "Ssapule ye ya kiragala." }, { "english": "I will take the children to school.", "luganda": "Abaana nja kubatwala ku ssomero." }, { "english": "I wonder why he left the desk so quickly.", "luganda": "Nneebuuza lwaki yavudde ku ntebe mangu." }, { "english": "The broom is kept in the corner of the room.", "luganda": "Olweyo balukuumira mu nsonda y'ekisenge." }, { "english": "She has long beautiful fingers.", "luganda": "Engalo ze mpanvu era zirabika bulungi." }, { "english": "It is like he knew you were coming.", "luganda": "Alinga abadde amanyi nti ojja." }, { "english": "He took out five bundles of fifty thousand notes from his bag.", "luganda": "Yaggye mu nsawo ye obuvangata bwa mitwalo etaano ettaano." }, { "english": "Do you know how to use the counting machine?", "luganda": "Omanyi engeri y'okukozesaamu ekyuma ekibala ssente?" }, { "english": "All children were silent in the classroom.", "luganda": "Abaana bonna mu kibiina baabadde basirise." }, { "english": "Cassette tapes are no longer on market.", "luganda": "Tteepu z'ennyimba tezikyatundibwa." }, { "english": "He handed to you a grey box package.", "luganda": "Yakuwadde ekitereke mu bbookisi eya kitosi." }, { "english": "It is a pleasure doing business with you.", "luganda": "Nyumirwa nnyo okukola naawe bizineesi." }, { "english": "There is a bank in the trading center.", "luganda": "Mu sitenseni waliwo bbanka." }, { "english": "My father records down everything in his notebook.", "luganda": "Taata wange awandiika buli kimu mu katabo ke." }, { "english": "What did he write in the letter?", "luganda": "Biki bye yawandiise mu bbaluwa?" }, { "english": "He opened his drawer to pick a pen.", "luganda": "Yaguddewo dduloowa okuggyamu bbayiro." }, { "english": "He pulled out a receipt book and wrote out a receipt for me.", "luganda": "Yaggyeeyo akatabo ka lisiiti n'ankolera lisiiti." }, { "english": "The money is in my bank account.", "luganda": "Ssente ziri ku akawunta yange eya bbanka." }, { "english": "She was talking to her father on phone.", "luganda": "Yabadde ayogera ne taata we ku ssimu." }, { "english": "What is the time now?", "luganda": "Essaawa ziri mmeka kati?" }, { "english": "My friend can speak both Luganda and English.", "luganda": "Mukwano gwange asobola okwogera Oluganda n'Olungereza." }, { "english": "Her brother dropped out of school.", "luganda": "Mwannyina yava mu ssomero." }, { "english": "After the phone call she hangs up.", "luganda": "Oluvannyuma lw'okwogerera ku ssimu yagiggyeeko." }, { "english": "The ladies gave birth on the same day.", "luganda": "Abakazi baazaalira ku lunaku lwe lumu." }, { "english": "He picked her along the road.", "luganda": "Yamusanze ku kkubo n'amutwala." }, { "english": "His money was piled in bundles of a hundred thousand shillings.", "luganda": "Yabadde n'obuvangata bwa mitwalo kkumi kkumi." }, { "english": "What pleases you?", "luganda": "Kiki ekikusanyusa?" }, { "english": "The prince took us around his castle.", "luganda": "Omulangira yatulambuzza olubiri lwe." }, { "english": "He asked me to stay.", "luganda": "Yansabye okusigala." }, { "english": "She has pimples on her face.", "luganda": "Alina embalabe mu maaso." }, { "english": "I felt so lonely during the night.", "luganda": "Nnawulira ekiwuubaalo ekiro." }, { "english": "When she smiles dimples appear on her cheeks.", "luganda": "Bw'amwenya obunnya bujja ku matama ge." }, { "english": "I look forward to my wedding day.", "luganda": "Nneesunga olunaku lw'embaga yange." }, { "english": "His body is so weak.", "luganda": "Munafu nnyo." }, { "english": "The baby has soft hands.", "luganda": "Omwana alina engalo ezigonda." }, { "english": "She laughed out loud as he tickled her.", "luganda": "Yaseka nnyo ng'amunyonyogera." }, { "english": "The room was warm.", "luganda": "Ennyumba yali ebuguma." }, { "english": "That same night he traveled back to his family.", "luganda": "Ekiro ekyo kyennyini yaddayo mu maka ge." }, { "english": "Sickles are used in reaping cereal crops at harvest time.", "luganda": "Ebiwabyo bikozesebwa mu kukungula emmere ey'empeke." }, { "english": "Why did you push him away?", "luganda": "Lwaki wamusindika?" }, { "english": "The dog chased the thief.", "luganda": "Embwa yagoba omubbi." }, { "english": "Some employees were denied pay.", "luganda": "Abakozi abamu tebaasasulwa musaala." }, { "english": "How could she betray her sister?", "luganda": "Ayinza atya okulya mu muganda we olukwe?" }, { "english": "He rushed in order to catch up with the train.", "luganda": "Yayanguwa okusobola okusanga eggaali y'omukka." }, { "english": "I pray before going to bed.", "luganda": "Nsaba nga sinagenda mu buliri." }, { "english": "She is afraid of the dark.", "luganda": "Atya enzikiza." }, { "english": "He has very good handwriting.", "luganda": "Awandiika bulungi." }, { "english": "The pen was given to her as a gift.", "luganda": "Bbayiro yamuweebwa nga kirabo." }, { "english": "You should write down your dreams somewhere.", "luganda": "Osaanidde okubaako w'owandiika ebirooto byo." }, { "english": "I bought a new notebook.", "luganda": "Nnagula akatabo akapya omw'okuwandiika ebintu byange." }, { "english": "I wonder how I will achieve my dreams.", "luganda": "Nneebuuza engeri gye nnaatuuka ku birooto byange." }, { "english": "How did you know that she is the right woman for you?", "luganda": "Wamanya otya nti ye mukazi akusaanira?" }, { "english": "He wants to be successful in life.", "luganda": "Ayagala kuba n'obulamu obweyagaza." }, { "english": "What is your definition of a successful man?", "luganda": "Omusajja alina obulamu obweyagaza omunnyonnyola otya?" }, { "english": "How are you going to protect her?", "luganda": "Ogenda kumukuuma otya?" }, { "english": "He lied that his father was a minister.", "luganda": "Yalimba nti kitaawe minisita." }, { "english": "She does not want to work for anyone again.", "luganda": "Tayagala kuddamu kukolera muntu mulala yenna." }, { "english": "Some dreams need money to be obtained.", "luganda": "Ebirooto ebimu byetaagisa ssente okusobola okubituukako." }, { "english": "Most women want men with money.", "luganda": "Abakazi abasinga baagala basajja balina ssente." }, { "english": "He shared all his ambitions with his wife.", "luganda": "Ebiruubirirwa bye byonna yabibuulirako mukyala we." }, { "english": "He has a small button phone.", "luganda": "Akasimu k'alina kabupeesa butono." }, { "english": "She is usually up-country on official duty.", "luganda": "Atera okugenda mu bitundu by'omu mambuka g'eggwanga ku mirimu gya ofiisi." }, { "english": "My brother rents a two-roomed self-contained house.", "luganda": "Muganda wange apangisa ennyumba ya bisenge bibiri erimu buli kintu." }, { "english": "Yesterday evening he was sitting at the neighbor's verandah.", "luganda": "Jjo akawungeezi yabadde atudde ku lubalaza lwa muliraanwa." }, { "english": "The wall has cracks.", "luganda": "Ekisenge kirimu enjatika." }, { "english": "He has a very beautiful living room.", "luganda": "Alina eddiiro erirabika obulungi." }, { "english": "The wooden chair got broken.", "luganda": "Entebe eyakolebwa mu muti yamenyeka." }, { "english": "He was wearing a maroon shirt and black trousers.", "luganda": "Yali ayambadde essaati emmyufu n'empale enzirugavu." }, { "english": "The flower vase is empty.", "luganda": "Ekibya ky'ekimuli kikalu." }, { "english": "We have family pictures in the living room.", "luganda": "Tulina ebifaananyi by'ab'omu maka gaffe mu ddiiro." }, { "english": "His friend gave him black trendy jeans.", "luganda": "Mukwano gwe yamuwa jjiini enzirugavu." }, { "english": "The nail in the wall pierced him.", "luganda": "Omusumaali ogwali mu kisenge gwamufumita." }, { "english": "The keys are in my jacket.", "luganda": "Ebisumuluzo biri mu kooti yange." }, { "english": "The sandals she left at the doorstep outside were stolen.", "luganda": "Esiripa ze yaleka wabweru ku mulyango baazibba." }, { "english": "He went to a cheap bar to drink.", "luganda": "Yagenda mu bbaala eyalayisi okunywamu." }, { "english": "There is a lot of entertainment on the different television channels.", "luganda": "Waliwo ebisanyusa bingi ku mikutu gya ttivi egy'enjawulo." }, { "english": "The shelves of the shop were empty.", "luganda": "Amasa g'omudduuka gaali makalu." }, { "english": "The light source was a blue bulb.", "luganda": "Ekitangaala kyali kiva ku bbalubu eyabbulu." }, { "english": "What is your favorite drink?", "luganda": "Kyakunywa ki ekisinga okukuwoomera?" }, { "english": "How often do you visit a massage parlor?", "luganda": "Otera kugenda mirundi emeka mu kifo gye bakolera masaagi?" }, { "english": "The chair is too small for her.", "luganda": "Tagya mu katebe kubanga katono nnyo." }, { "english": "What is the purpose of today's meeting?", "luganda": "Olukungaana lwa leero lulina kigendererwa ki?" }, { "english": "My sister wanted to tell me something in private.", "luganda": "Muganda wange alina kye yali ayagala okumbuulira mu kyama." }, { "english": "The table was made out of wood.", "luganda": "Emmeeza yakolebwa mu muti." }, { "english": "By the look on her face she is stressed.", "luganda": "Endabika ye ey'oku maaso eraga nti alina ebimweraliikiriza." }, { "english": "What worries you most?", "luganda": "Kiki ekisinga okukweraliikiriza?" }, { "english": "Is everything ok with you?", "luganda": "Oli bulungi?" }, { "english": "He feels propelled to tell her the truth.", "luganda": "Awawulira nti asindikirizibwa okumubuulira amazima." }, { "english": "Some people have successfully achieved their dreams.", "luganda": "Abantu abamu batuuse ku birooto byabwe." }, { "english": "Do the right things at the right time.", "luganda": "Kola ebintu ebituufu mu kiseera ekituufu." }, { "english": "Whenever I think about her I smile.", "luganda": "Buli lwe mmulowoozaako mmwenya." }, { "english": "Prove that you're innocent of the crime.", "luganda": "Kakasa nti tolina musango." }, { "english": "He wanted to prove his love for her but all in vain.", "luganda": "Yali ayagala okumukakasa nti amwagala naye ng'ayiwa mazzi mu kisero." }, { "english": "What was written on the piece of paper?", "luganda": "Kiki ekyali kiwandiikiddwa ku lupapula?" }, { "english": "My grandmother does not know how to read.", "luganda": "Jjajja wange omukazi tamanyi kusoma." }, { "english": "She folded the paper and threw it in the dust bin.", "luganda": "Yafunya olupapula n'alusuula mu kasasiro." }, { "english": "This book was written a year ago.", "luganda": "Ekitabo kino kyawandiikibwa mwaka gumu emabega." }, { "english": "She believes in her husband.", "luganda": "Akkiririza mu mwami we." }, { "english": "The seats were not enough for everyone.", "luganda": "Entebe zaali tezimala." }, { "english": "Some couples are very romantic during courtship.", "luganda": "Abantu abamu balagangana nnyo omukwano nga boogerezeganya." }, { "english": "I had a wonderful evening.", "luganda": "Nnanyumiddwa nnyo akawungeezi." }, { "english": "Mother warned her never to come home late again.", "luganda": "Maama yamulabula obutadda waka ng'obudde buyise." }, { "english": "Short distances are walkable.", "luganda": "Engendo ennyimpi zitambulika." }, { "english": "He put his hand on her shoulder.", "luganda": "Yateeka omukono gwe ku kibegabega kye." }, { "english": "When she reached the door she knocked so that someone could open it.", "luganda": "Bwe yatuuka ku luggi yakonkona basobole okumuggulira." }, { "english": "He wished her a good night.", "luganda": "Yamwagaliza ekiro ekirungi." }, { "english": "He owns a motorcycle.", "luganda": "Alina pikipiki." }, { "english": "What is the distance between his home and yours?", "luganda": "Olugendo lwenkana wa okuva ewuwe okutuuka ewammwe." }, { "english": "Why is it so difficult for people to tell the truth?", "luganda": "Lwaki abantu bazibuwalirwa nnyo okwogera amazima?" }, { "english": "Youths are motivated to pursue their dreams.", "luganda": "Abavubuka baagala nnyo okutuuka ku birooto byabwe." }, { "english": "The night is fairly peaceful.", "luganda": "Okutwalira awamu ekiro kikkakkamu." }, { "english": "Tomorrow is a Friday.", "luganda": "Enkya Lwakutaano." }, { "english": "He met his friend in the afternoon.", "luganda": "Mukwano gwe yamusisinkana lwaggulo." }, { "english": "He will find work for you.", "luganda": "Ajja kukufunira omulimu." }, { "english": "It's a ten minutes drive from here to town.", "luganda": "Kitwala eddaakiika kkumi okuva wano okutuuka mu kibuga ng'ogendedde mu mmotoka." }, { "english": "He stays with his father.", "luganda": "Abeera ne kitaawe." }, { "english": "The window has a lot of dust on it.", "luganda": "Eddirisa lijjudde enfuufu." }, { "english": "He did not greet me.", "luganda": "Teyambuuzizza." }, { "english": "As soon as the car entered she closed the gate.", "luganda": "Emmotoka bwe yamala okuyingira bw'eti yagalawo ggeeti." }, { "english": "He looked through the window to see who was calling him.", "luganda": "Yatunula mu ddirisa alabe amuyita." }, { "english": "The boy does not have friends.", "luganda": "Omulenzi talina mikwano." }, { "english": "He greeted me as soon as he reached for the door.", "luganda": "Yambuuza nga yakatuuka ku luggi." }, { "english": "We shook hands with him.", "luganda": "Twekwata mu ngalo naye." }, { "english": "Tell me about some of the challenges you are facing at school.", "luganda": "Mbuulira okumu ku kusoomooza kw'osanga ku ssomero." }, { "english": "Do you know that man?", "luganda": "Omusajja oyo omumanyi?" }, { "english": "She hopes to get a new job very soon.", "luganda": "Asuubira okufuna omulimu omulala mu kiseera ekitali kya wala." }, { "english": "The house was disorganized.", "luganda": "Ennyumba yali nkyankalamu." }, { "english": "His breath changed suddenly.", "luganda": "Omukka gwe yali assa gwakyukirawo." }, { "english": "The thieves stole his television set.", "luganda": "Ababbi babba ttivi ye." }, { "english": "Did you forgive her?", "luganda": "Wamusonyiwa?" }, { "english": "Guess who is throwing a party tonight?", "luganda": "Tteeba agenda okukola akabaga ekiro kya leero?" }, { "english": "What was he chewing?", "luganda": "Kiki kye yali agaaya?" }, { "english": "Just tell me the truth.", "luganda": "Mbuulira amazima." }, { "english": "I am not in a guessing mood.", "luganda": "Siri mwetegefu kuteebereza." }, { "english": "Guess who bought me the new pair of shoes.", "luganda": "Tteeba eyangulidde engatto zino empya." }, { "english": "He lost interest in the conversation.", "luganda": "Yali takyanyumirwa mboozi." }, { "english": "He placed his feet on the table.", "luganda": "Yateeka ebigere bye ku mmeeza." }, { "english": "Only guests are expected to attend the ceremony.", "luganda": "Abagenyi abayite bokka be basuubirwa okujja ku mukolo." }, { "english": "I cannot believe that they are now friends.", "luganda": "Sisobola kukikkiriza nti kati bamukwano." }, { "english": "He stood up from the chair and left the seat for the pregnant woman.", "luganda": "Yava ku ntebe n'agirekera omukazi eyali olubuto." }, { "english": "What has excited you so much today?", "luganda": "Kiki ekikusanyisizza ennyo leero?" }, { "english": "I imagine living in a big mansion when I grow up.", "luganda": "Nkuba akafaananyi nga mbeera mu nnyumba ennene nga nkuze." }, { "english": "She had not included rice on the shopping list.", "luganda": "Ku lukalala lw'ebintu bye yali agenda okukugula yali tataddeeko mukyere." }, { "english": "He took it as a privilege to have dined with the rich people in the city.", "luganda": "Yagitwala nga nkizo okuliirako awamu n'abagagga ab'omu kibuga." }, { "english": "She is an extraordinary woman.", "luganda": "Mukazi wa njawulo nnyo." }, { "english": "She did not have a proper outfit for the occasion.", "luganda": "Yali talina lugoye lusaanira mukolo." }, { "english": "He always has a way out.", "luganda": "Bulijjo afuna eggezi eddala." }, { "english": "Avoid worrying about things you cannot change.", "luganda": "Weewale okweraliikirira ebintu by'otasobola kukyusa." }, { "english": "You will dress up from my room.", "luganda": "Ojja kwambalira mu kisenge kyange." }, { "english": "My old man wears suits.", "luganda": "Muzeeyi wange ayambala suuti." }, { "english": "What will you do over the weekend?", "luganda": "Kiki ky'ogenda okukola ku wiikendi?" }, { "english": "He will find a nice suit for you.", "luganda": "Nkakasa nti ajja kukufunira esuuti ennungi." }, { "english": "You have to get ready for the journey.", "luganda": "Olina okwetegekera olugendo." }, { "english": "At what time will the function start?", "luganda": "Omukolo gutandika ssaawa mmeka?" }, { "english": "Take a shower and change those clothes.", "luganda": "Nnaaba okyuse engoye ezo." }, { "english": "You have to do what the doctor says.", "luganda": "Olina okugoberera ebiragiro by'omusawo." }, { "english": "He does not have shoes.", "luganda": "Talina ngatto." }, { "english": "She dressed up in a black dress.", "luganda": "Yayambala ekiteteeyi ekiddugavu." }, { "english": "Are you ready to go?", "luganda": "Oli mwetegefu okugenda?" }, { "english": "The kraal is dirty please clean it.", "luganda": "Ekiraalo kikyafu kirongoose." }, { "english": "Will you help me clean this house tomorrow?", "luganda": "Ononnyambako okuyonja ennyumba eno enkya?" }, { "english": "The weather outside is cool.", "luganda": "Obudde wabweru bunyogovu." }, { "english": "How does the chessboard look like?", "luganda": "Bboodi kwe bazzanyira omuzannyo gwa kyesi efaanana etya?" }, { "english": "She was shamelessly undressing in public.", "luganda": "Teyalina nsonyi kweyambulira mu maaso g'abantu." }, { "english": "He left the apartment at ten o'clock.", "luganda": "Yava mu nnyumba okugenda ku ssaawa nnya." }, { "english": "The askari refused to open the gate for him.", "luganda": "Omukuumi yagaana okumuggulira geeti." }, { "english": "Almost every guest at the dinner party had a car.", "luganda": "Kumpi buli mugenyi eyabadde ku kabaga yabadde alina emmotoka." }, { "english": "The prime minister is a very important person in the country.", "luganda": "Ssaabaminisita muntu mukulu nnyo mu ggwanga." }, { "english": "I like that dark blue dress.", "luganda": "Njagala nnyo olugoye olwo olwa bbulu omukwafu." }, { "english": "His estate is very big.", "luganda": "Esiteeti ye nnene nnyo." }, { "english": "About three large gardens make up the front of the house.", "luganda": "Mu maaso g'ennyumba waliwo ennimiro ennene nga ssatu." }, { "english": "There are two entrances at the venue.", "luganda": "Okutuuka mu kifo waliwo awayingirirwa wa mirundi ebiri." }, { "english": "There are nice drawings at the art gallery.", "luganda": "Mu mwoleso gw'ebifaananyi waliyo ebifaananyi ebisiige ebirabika obulung." }, { "english": "The pillars support the building.", "luganda": "Empagi ziwanirira ekizimbe." }, { "english": "He knows how to make statues.", "luganda": "Amanyi engeri y'okukolamu ebibumbe." }, { "english": "I admired all the hangings on the walls.", "luganda": "Nneegomba ebifaananyi byonna ebyali bitimbiddwa ku bisenge." }, { "english": "The portrait of his daughter was created from multi-colored glass.", "luganda": "Ekifaananyi kya muwala we baakikola mu giraasi eza langi ez'enjawulo." }, { "english": "What is Uganda's emblem?", "luganda": "Akabonero ka Uganda ke kaluwa?" }, { "english": "He keeps the utensils in the glass cupboard.", "luganda": "Ebintu eby'okukozesa abikuumira mu kabada ya birawuli." }, { "english": "I noticed the water fountain in the middle of the room.", "luganda": "Nnalaba ensulo y'amazzi mu makkati g'ennyumba." }, { "english": "What did he use to come up with the paintings?", "luganda": "Yakozesezza ki okusiiga ebifaananyi?" }, { "english": "All people were looking at the preacher.", "luganda": "Abantu bonna baali batunuulidde omubuulizi." }, { "english": "I could not leave the little girl alone at home.", "luganda": "Akawala ako akato nnali sisobola kuleka kokka awaka." }, { "english": "Some people believe by seeing.", "luganda": "Abantu abamu bakkiriza balabyeko." }, { "english": "The rich man's possessions were featured in the national newspapers.", "luganda": "Ebintu by'omusajja omugagga byafulumira mu mpapula z'amawulire ez'eggwanga." }, { "english": "The stars are brightly shining in the sky.", "luganda": "Emmunyeenye zimasamasa mu bbanga." }, { "english": "Avocado is oval.", "luganda": "Ovakedo aba mwekulungirivu." }, { "english": "The surface of the stone is smooth.", "luganda": "Ejinja liweweevu." }, { "english": "The sunlight rays dry our clothes.", "luganda": "Omusana gukaza engoye zaffe." }, { "english": "Some diseases are hereditary.", "luganda": "Endwadde ezimu zisikirwa busikirwa." }, { "english": "The diamond earrings were worth the cost.", "luganda": "Eby'oku mattu eby'ekikomo byali bigya mu ssente." }, { "english": "Convert all the dollars to shillings.", "luganda": "Kyusa ddoola zonna ozizze mu siringi." }, { "english": "He sleeps with his Bible under the pillow.", "luganda": "Yeebaka ne Bayibuli ye wansi wa piro." }, { "english": "Look around to see if anyone is watching you.", "luganda": "Weetegereze olabe obanga waliwo akulaba." }, { "english": "She is a rich man's daughter.", "luganda": "Muwala wa musajja mugagga." }, { "english": "People left the venue through various exits.", "luganda": "Abantu baava mu kifo nga bayita mu miryango egy'enjawulo." }, { "english": "Mother ironed father's pair of trousers.", "luganda": "Maama yagolola empale za taata." }, { "english": "I used to enjoy watching Nigerian movies.", "luganda": "Nnali nyumirwa nnyo okulaba firimu z'Ekinagyeriya." }, { "english": "What was the root cause of rapid deaths in the village?", "luganda": "Kiki ekyali kiviirako abantu okufiira okumu okumu ku kyalo?" }, { "english": "He said witchcraft cannot affect you unless you believe in it.", "luganda": "Yagamba nti eddogo terisobola kukukwata okuggyako ng'olikkiririzaamu." }, { "english": "Through prayer we can cast out demons.", "luganda": "Okuyitira mu kusaba tusobola okugoba dayimooni." }, { "english": "God hears our prayers.", "luganda": "Katonda awulira essaala zaffe." }, { "english": "What was written in today's newspapers?", "luganda": "Biki ebyabadde mu mpapula z'amawulire olwa leero?" }, { "english": "The schoolboy was carrying a heavy bag.", "luganda": "Omwana w'essomero yali asitudde ensawo ezitowa." }, { "english": "We lost interest in the party.", "luganda": "Twali tetukyanyumirwa kabaga." }, { "english": "I will return your father’s suit tomorrow.", "luganda": "Nja kukomyawo suuti ya taata wo enkya." }, { "english": "She suddenly left before the party ended.", "luganda": "Yagenda ng'akabaga tekannaggwa." }, { "english": "He walked successfully past all three exits.", "luganda": "Emiryango gyonna esatu yagiyitako nga tafunye buzibu bwonna." }, { "english": "What is the right thing to do?", "luganda": "Kiki ekituufu okukola?" }, { "english": "The two heavily-bodied men are holding guns.", "luganda": "Abasajja abanene babiri bakutte emmundu." }, { "english": "Footballers use their legs to kick the ball.", "luganda": "Abazannyi b'omupiira bakozesa amagulu gaabwe okusamba akapiira." }, { "english": "The bridegroom was wearing a white coat.", "luganda": "Omugole omusajja yali ayambadde kkooti enjeru." }, { "english": "She goes to witch doctors.", "luganda": "Agenda mu basamize." }, { "english": "Why did you embarrass her in front of the guests?", "luganda": "Lwaki wamuswaliza mu maaso g'abagenyi." }, { "english": "Who did you come with?", "luganda": "Wazze n'ani?" }, { "english": "I do not know that man.", "luganda": "Omusajja oyo simumanyi." }, { "english": "He denied the boys food.", "luganda": "Yagaana okuwa abalenzi emmere." }, { "english": "The sound of sirens is scary.", "luganda": "Amaloboozi g'obugombe gatiisa." }, { "english": "The luggage was dumped into the back of a double cabin vehicle.", "luganda": "Omugugu gwasuulibwa emabega ku ppikaapu ey'ekika kya ddabokabini." }, { "english": "Why do you lend things that are not yours?", "luganda": "Lwaki owola ebintu ebitali bibyo?" }, { "english": "What is your dream?", "luganda": "Kirooto ki ky'olina?" }, { "english": "The vehicle that knocked him down was at a very high speed.", "luganda": "Emmotoka eyamutomera yali eddukira ku sipiidi ya waggulu nnyo." }, { "english": "You were right I do not stay with my parents.", "luganda": "Wali mutuufu sibeera na bazadde bange." }, { "english": "The vehicle had a mechanic break down.", "luganda": "Emmotoka yalina ekizibu." }, { "english": "He felt physical pain in his body after the fall.", "luganda": "Yalumizibwa mu mubiri oluvannyuma lw'ekigwo." }, { "english": "She slept in a three-walled unpainted cubicle.", "luganda": "Yasula mu kayumba ka nsonda ssatu akaali katasiigiddwa langi." }, { "english": "He slammed the door behind him.", "luganda": "Yakuba oluggi ng'aluggalawo." }, { "english": "Depression sets in as you try to deal with reality.", "luganda": "Bw'omala okutegeera obuzibu bw'olimu wennyamira." }, { "english": "Living in self-denial is not good.", "luganda": "Si kirungi okwerumya." }, { "english": "It is a matter of time if something is to be yours it will be.", "luganda": "Kiwe obudde ekintu bwe kiba kikyo kijja kuba kikyo." }, { "english": "He put off his coat and placed it on the bench.", "luganda": "Yaggyamu kkooti n'agiteeka ku ntebe." }, { "english": "He walks while pocketing.", "luganda": "Atambula akutte mu nsawo." }, { "english": "Very many people fear witchcraft.", "luganda": "Abantu bangi batya eddogo." }, { "english": "Does it matter anyway?", "luganda": "Naye ddala kikulu?" }, { "english": "He was locked in a prison cell.", "luganda": "Baamusibira mu kaduukulu k'ekkomera." }, { "english": "We live in a real world.", "luganda": "Tubeera mu nsi eya ddala." }, { "english": "It feels good to be loved.", "luganda": "Owulira bulungi ng'oyagalibwa." }, { "english": "The thunderstruck the tree that was in the compound.", "luganda": "Laddu yakuba omuti ogwali mu luggya." }, { "english": "Of the two who is fooling who?’", "luganda": "Ku bombi ani abuzaabuza munne?’" }, { "english": "I participate in sports to keep my body in shape.", "luganda": "Nneenyigira mu by'emizannyo okusobola okukuuma omubiri gwange nga mulamu bulungi." }, { "english": "We have two dogs at home.", "luganda": "Tulina embwa bbiri awaka." }, { "english": "What is your favorite television show?", "luganda": "Programu ki esinga okukunyumira ku ttivi?" }, { "english": "She has a good English name", "luganda": "Erinnya lye ery'Olungereza ddungi" }, { "english": "How many people stay in that house?", "luganda": "Bantu bameka ababeera mu nnyumba eyo?" }, { "english": "His son is in the middle class.", "luganda": "Mutabani we ali mu mido." }, { "english": "The shirt has no sleeves.", "luganda": "Essaati terina mikono." }, { "english": "I want to get rich.", "luganda": "Njagala kugaggawala." }, { "english": "Tomorrow is her day off from work.", "luganda": "Enkya tagenda kukola." }, { "english": "He found the kids playing on the banana plantation.", "luganda": "Yasanga abaana bazannyira mu lusuku lw'amatooke." }, { "english": "Grasshoppers are common during the rainy season in November.", "luganda": "Enseenene ziba nnyingi nnyo mu kiseera ky'enkuba mu mwezi gwa Noovemba." }, { "english": "The banana leaves dried up.", "luganda": "Endagala zaakala." }, { "english": "She bought some sweets for the twins.", "luganda": "Yagulira abalongo swiiti." }, { "english": "We cook grasshoppers after plucking off their legs and wings.", "luganda": "Enseenene tuzisiika nga tumaze okuziggyako amagulu n'ebyoya." }, { "english": "The sweets were of different colors.", "luganda": "Swiiti yali wa langi za njawulo." }, { "english": "Polythene bags were banned because they are a threat to the environment.", "luganda": "Obuveera bwawerebwa olw'okuba bwa bulabe eri obutonde." }, { "english": "I felt the sticky honey sweetness fill my mouth.", "luganda": "Nnawulira okuwoomerera kw'omubisi gw'enjuki omukwafvu mu kamwa kange." }, { "english": "Strangers ran past my house last night.", "luganda": "Abantu be saategedde badduse ne bayita ku nnyumba yange ekiro." }, { "english": "He was panting as he climbed up the hill.", "luganda": "Yali assa nnyo ng'alinnya olusozi." }, { "english": "We want to tell him the news quickly.", "luganda": "Twagala tumubuulire mangu amawulire." }, { "english": "Mother did not want us to play with her.", "luganda": "Maama yali tayagala tuzannye naye." }, { "english": "That child has bad manners.", "luganda": "Omwana oyo alina empisa embi." }, { "english": "Aunt came from Kampala district.", "luganda": "Ssenga yava mu disitulikiti y'e Kampala." }, { "english": "Grasshoppers have wings and legs.", "luganda": "Enseenene zirina ebiwawaatiro n'amagulu." }, { "english": "The wind was blowing the banana leaves from side to side.", "luganda": "Empewo yali efuuwa endagala ng'ezizza eno n'eri." }, { "english": "She brought us some sweets.", "luganda": "Yatuleetera swiiti." }, { "english": "He accidentally dropped the saucepan he was holding.", "luganda": "Nga tagenderedde yasuula ssepiki gye yali akutte." }, { "english": "The stone broke into extra smaller pieces.", "luganda": "Ejjinja lyamenyekamenyekamu obutundutundu obutono." }, { "english": "We have been good friends despite mummy’s restriction.", "luganda": "Tubadde ba mikwano nnyo wadde nga maama yali yatugaana." }, { "english": "Why did you throw away the leftovers?", "luganda": "Lwaki wasuula emmere eyali efisseewo?" }, { "english": "We are on the winning side.", "luganda": "Tuli ku ludda oluwanguzi." }, { "english": "He was missing two lower teeth which left a gap.", "luganda": "Yali talina mannyo abiri aga wansi era yalina eddibu." }, { "english": "What has made you laugh?", "luganda": "Kiki ekikusesezza?" }, { "english": "Ripe bananas are sweet.", "luganda": "Amenvu agengedde gawooma." }, { "english": "Babies' teeth grow fast.", "luganda": "Amannyo g'abaana abato gakula mangu." }, { "english": "His dance strokes made us laugh even more.", "luganda": "Engeri gye yali azinamu yatuleetera okwongera okuseka." }, { "english": "The banana plantation is on five hectares of land.", "luganda": "Olusuku lw'amatooke luli ku ttaka eriweza eka ttaano." }, { "english": "He no longer owns that piece of land.", "luganda": "Ettaka eryo terikyali lirye." }, { "english": "My grandfather is a very old man.", "luganda": "Jjajja omusajja mukadde nnyo." }, { "english": "He planted oranges and pawpaw trees at the side of his plantation.", "luganda": "Yasimba amapaapaali n'emicungwa ku mmabali g'olusuku lwe." }, { "english": "He is a lecturer at one of the best universities in the country.", "luganda": "Musomesa mu emu ku yunivasite ezisinga obulungi mu ggwanga." }, { "english": "The organization wanted a new Board of Directors.", "luganda": "Ekibiina kyali kyetaaga abakulembeze abapya." }, { "english": "The company merged the sales department with the marketing department.", "luganda": "Kampuni yagatta wamu ekitongole ekitunzi n'ekinoonya akatale." }, { "english": "Her mother started a poultry farm last year.", "luganda": "Maama we yatandika okulunda enkoko omwaka oguwedde." }, { "english": "His pigs were infected with the swine flu.", "luganda": "Embizzi ze zaakwatibwa ssenyiga w'embizzi." }, { "english": "He convinced his mother to buy a new house.", "luganda": "Yamatiza maama we okugula ennyumba empya." }, { "english": "The government banned the use of polythene bags.", "luganda": "Gavumenti yawera obuveera." }, { "english": "The village has been infected with Ebola.", "luganda": "Wabaluseewo ekirwadde kya Ebola ku kyalo." }, { "english": "The banana plantation owners formed an association yesterday.", "luganda": "Abalimi b'amatooke jjo baatandiseewo ekibiina ekibagatta." }, { "english": "The new elect-leaders are ready for the swear-in ceremony.", "luganda": "Abakulembeze abapya abaalondebwa beetegekedde omukolo gw'okulayizibwa." }, { "english": "The two organizations signed an agreement to settle their quarrel.", "luganda": "Ebibiina ebibiri byassa omukono ku ndagaano okugonjoola enkaayana ze byalina." }, { "english": "The company created a new position in the management department.", "luganda": "Kampuni yataddewo ekifo ekipya mu kitongole ekigiddukanya." }, { "english": "Their school team won the hockey match last evening.", "luganda": "Ttiimu yaabwe ey'essomero yawangudde empaka z'omuzannyo gwa hockey jjo olweggulo." }, { "english": "They attended a party in the middle of the town.", "luganda": "Baagenze ku kabaga akaabadde wakkati mu kibuga." }, { "english": "My father has a debt of five million Uganda shillings.", "luganda": "Taata wange alina ebbanja lya bukadde butaano." }, { "english": "The manager organized a meeting with the new investors.", "luganda": "Maneja yafunye olukungaana ne bayinvesita abapya." }, { "english": "The police arrested the gang of thieves at midday.", "luganda": "Poliisi yakutte ekibinja ky'ababbi mu ttuntu." }, { "english": "The two children escaped from the refugee camp last Thursday.", "luganda": "Abaana ababiri baatoloka mu nkambi y'abanoonyi b'obubudamu ku Lwokuna oluwedde." }, { "english": "The police started investigating the prisoner's escape yesterday.", "luganda": "Olunaku lwa jjo poliisi yatandise okunoonyereza ku basibe abaatoloka." }, { "english": "The price of sugar increased to seven thousand Uganda shillings last month.", "luganda": "Bbeeyi ya ssukaali yalinnya n'etuuka ku kasanvu omwezi oguwedde." }, { "english": "My father owns a sugar mill in the village.", "luganda": "Taata wange alina ekyuma ekikola ssukaali mu kyalo." }, { "english": "The procurement process has several steps involved in it.", "luganda": "Waliwo emitendera egiwerako egiyitibwamu okusobola okufuna eby'amaguzi oba empeereza." }, { "english": "The legislators signed an income tax bill yesterday.", "luganda": "Olunaku lwa jjo abateesi b'amateeka baatadde omukono ku tteeka erikwata ku musolo oguggibwa ku nnyingiza y'omuntu." }, { "english": "He has always been a leader from childhood.", "luganda": "Abadde mukulembeze okuviira ddala mu buto." }, { "english": "His family saw him as a dictator.", "luganda": "Ab'omu maka ge baali bamutwala nga nnakyemalira." }, { "english": "She didn't support any political party.", "luganda": "Talina kibiina kya bufuzi kyonna kye yawagira." }, { "english": "The pupils made research about that political party.", "luganda": "Abayizi baanoonyereza ku kibiina ky'obufuzi ekyo." }, { "english": "The class teacher scared his students.", "luganda": "Omusomesa yatiisatiisa abayizi be." }, { "english": "He was paid some money to lie about the kidnapping case.", "luganda": "Yaweebwa ssente alimbe mu musango ogw'okuwamba." }, { "english": "There is an increase in the number of cholera infections among the children living in slums.", "luganda": "Omuwendo gw'abaana abalwala obulwadde bwa kolera mu bifo eby'omugotteko gweyongedde." }, { "english": "She died from the Human Immunodeficiency Virus because of no access to treatment.", "luganda": "Akawuka akaleeta siriimu kaamutta lwa kubulwa bujjanjabi." }, { "english": "The school published his report today.", "luganda": "Essomero lyafulumizza alipoota ye leero." }, { "english": "He ate beef suspected to have tapeworms.", "luganda": "Yalya ennyamba esuubirwa okuba nga yalimu enjoka." }, { "english": "He works in a gold mine.", "luganda": "Akola mu kirombe kya zzaabu." }, { "english": "The national football team has many fans.", "luganda": "Ttiimu y'eggwanga erina abawagizi bangi." }, { "english": "His birthday party didn't go as he had planned.", "luganda": "Akabaga k'amazaalibwa ge tekaatambudde nga bwe yabadde ayagala." }, { "english": "The football matches for this season will be aired on local television.", "luganda": "Emipiira gya sizoni eno gijja kulagibwa ku ttivi za kuno." }, { "english": "She joined the Kiswahili class yesterday", "luganda": "Yeegasse ku kibiina ky'Oluswayiri jjo." }, { "english": "The two travelers didn't understand the language the villagers spoke.", "luganda": "Abalambuzi ababiri baali tebategeera lulimi abantu ku kyalo lwe baali boogera." }, { "english": "Her brother is planning to start a mushroom farm in Jinja.", "luganda": "Mwannyina ateekateeka kutandika kulima butiko e Jinja." }, { "english": "The policemen told the people to stand some inches away from each other.", "luganda": "Owa poliisi yagamba abantu okuyimirira nga beewadde amabanga." }, { "english": "The Local Council One chairperson for Kamuli held a meeting with some sugarcane farmers.", "luganda": "Ssentebe wa LC1 e Kamuli yafuna olukungaana n'abamu ku balimi b'ebikajjo." }, { "english": "The judge asked for further investigations of the murder case.", "luganda": "Omulamuzi yasaba beeyongere okunoonyereza ku ttemu." }, { "english": "He appeared before the disciplinary committee last evening.", "luganda": "Yalabise mu maaso g'akakiiko akakangavvula olweggulo lwa jjo." }, { "english": "The graduates complained about the many old officials in public service offices.", "luganda": "Abaatikiddwa beemulugunyizza ku bantu abakuze ennyo mu myaka abakyali mu ofiisi za gavumenti." }, { "english": "His father retired from the ministry last Friday.", "luganda": "Taawa we yawummula emirimu gy'ekitongole ku Lwokutaano oluwedde." }, { "english": "My mother was promoted to the Chief Executive Officer of the organization.", "luganda": "Maama wange baamukuza n'aweebwa ekifo kya CEO w'ekibiina." }, { "english": "His first task was to hire new employees to replace the old ones.", "luganda": "Obuvunaanyizibwa bwe bwali bwa kuyingiza bakozi bapya badde mu kifo ky'abakadde." }, { "english": "The restaurant has many pending food orders due to lack of enough workers.", "luganda": "Abantu bangi balagirizza emmere mu wooteeri eyo naye tebannaggiweebwa olw'okuba abakozi tebamala." }, { "english": "The legislator's trial is scheduled for next week.", "luganda": "Omubaka wa palamenti agenda kuwozesebwa wiiki ejja." }, { "english": "The General Court Martial has only six people on its panel.", "luganda": "Kkooti y'amagye etuulako abantu mukaaga bokka." }, { "english": "His grandparents haven't received the money from the senior citizens' grant.", "luganda": "Bajjajja be tebannafuna ssente zaweebwayo kuyamba bannamukadde." }, { "english": "The legislators felt sorry for the people who were cheated out of the grant.", "luganda": "Ababaka ba palamenti baasaasira abantu abaalyazaamanyizibwa ne bataweebwa ku ssente ezo." }, { "english": "He wrote a report about the benefits of the new type of tomatoes.", "luganda": "Yawandiika ku miganyulo egiri mu kika ky'ennyanya ekipya." }, { "english": "People in villages rarely accept new technologies.", "luganda": "Abantu mu byalo tebatera kwanguyirwa kukkiriza tekinologiya mupya." }, { "english": "The government plans to give mosquito nets to the entire population of the country.", "luganda": "Gavumenti eteekateeka okuwa abantu mu ggwanga lyonna obutimba bw'ensiri." }, { "english": "Rural areas rarely have ways to fight disease outbreaks.", "luganda": "Abantu b'omu byalo tebatera kuba na ngeri ya kulwanyisaamu ndwadde eziba zibaluseewo." }, { "english": "Her brother received a reward from the president for his performance.", "luganda": "Mwannyina yafunye ekirabo okuva ewa pulezidenti olw'engeri gye yakozeemu." }, { "english": "He didn't break any rules when he saved the street children.", "luganda": "Talina tteeka lye yamenye mu kutaasa abaana ab'oku nguudo." }, { "english": "He was the head of the three schools.", "luganda": "Ye yali akulira amasomero ago asatu." }, { "english": "He encouraged the building of more factories in the entire region.", "luganda": "Yakubiriza abantu okuzimba amakolero amalala mu kitundu." }, { "english": "He has been the Local Council One chairperson for a long time.", "luganda": "Ekifo ky'obwa ssentebe wa LC1 akimazeeko ebbanga ddene." }, { "english": "The Local Council helps to handle local cases.", "luganda": "Ssentebe w'ekyalo ayambako mu kukola ku misango egy'oku kyalo." }, { "english": "There was a blood donation tent at the university for an entire month.", "luganda": "Weema ey'okugabiramu omusaayi yateekebwa ku yunivasite okumala omwezi mulamba." }, { "english": "The university has few qualified lecturers.", "luganda": "Yunivasite erina abasomesa batono abatuukiriza ebisaanyizo" }, { "english": "Their marriage ended because of poor communication.", "luganda": "Obufumbo bwabwe bwasattulukuka olw'okuba tebaalina mpuliziganya nnungi." }, { "english": "He was selected as the judge for their land case.", "luganda": "Gwe baalonda okulamula omusango ogukwata ku ttaka lyabwe." }, { "english": "The employees challenged their new supervisor to improve the company's sales.", "luganda": "Abakozi baagamba abakulira nti alina eddimu ery'okwongera ku bintu kampuni by'etunda." }, { "english": "His trial has been in line for three years.", "luganda": "Omusango gwe gukandaaliridde okumala emyaka esatu." }, { "english": "The director is holding information regarding the new organization structure.", "luganda": "Dayirekita alina ebikwata ku ngeri empya ekibiina gye kigenda okuddukanyizibwamu." }, { "english": "The final hearing of the case was set for the thirty-first of June.", "luganda": "Omusango ogwo gwa kuwulirwa era gukkomekkerezebwe nga asatu mu lumu Jjuuni." }, { "english": "The president asked the old civil servants to retire from their offices.", "luganda": "Pulezidenti yagamba abakozi ba gavumenti abakuze ennyo okuwummula emirimu gyabwe." }, { "english": "The football team got young players every year to replace the old ones.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira yafunanga abazannyi abato buli mwaka okudda mu kifo ky'abo abakuze." }, { "english": "The office threw a party to welcome its new employees.", "luganda": "Ofiisi yakola akabaga okwaniriza abakozi baayo abapya." }, { "english": "She smuggled a radio into school.", "luganda": "Yakukusa leediyo n'agiyingiza mu ssomero." }, { "english": "He tipped the police about the location of the thieves.", "luganda": "Yatemya ku poliisi ludda wa ababbi we baali." }, { "english": "He shot someone for knocking on his car.", "luganda": "Yakuba omuntu amasasi olw'okutomera emmotoka ye." }, { "english": "He was the only suspect for the murder of the legislator.", "luganda": "Ye yekka gwe baafuna eyali ateeberezebwa okutta omubaka wa palamenti." }, { "english": "The Board of Directors has to give the manager permission to introduce a new product.", "luganda": "Akakiiko ka badayirekita kalina okuwa maneja olukusa okutongoza ekintu ekipya." }, { "english": "The government wanted to cancel the organization's trading license.", "luganda": "Gavumenti yali eyagala okusazaamu layisinsi ekkiriza ekibiina okukola eby'obusuubuzi." }, { "english": "The school stopped registering new pupils because of investigations for examination malpractice.", "luganda": "Essomero lyayimiriza okuwandiisa abayizi abapya olw'okuba lyali linoonyerezebwako ku ky'okubba ebigezo." }, { "english": "He believed that his presidential candidate had won the election.", "luganda": "Yali mukakafu nti kandidenti we eyali yeesimbyewo ku bwa pulezidenti yali awangudde akalulu." }, { "english": "New leadership is needed for countries to develop further.", "luganda": "Amawanga gaba geetaaga abakulembeze abapya okusobola okweyongera okukulaakulana." }, { "english": "He was allowed to talk to the journalists after his trial.", "luganda": "Yakkirizibwa okwogera ne bannamawulire oluvannyuma lw'okuwozesebwa." }, { "english": "The head of the sales department in the organization was replaced by a woman.", "luganda": "Omukazi ye yadda mu kifo ky'eyali akulira ekitongole ekitunzi mu kibiina." }, { "english": "Social media has been used to run a fake story about his death.", "luganda": "Emikuttu emigattabantu gikozeseddwa okwogera eby'obulimba ku kufa kwe." }, { "english": "He got a contract of five years as an employee for the ministry.", "luganda": "Yafuna kontulakiti ya myaka etaano okukolera ekitongole." }, { "english": "The company reshuffled its staff last Monday.", "luganda": "Kampuni yakyusakyusa mu bakozi baayo ku lwa Bbalaza oluwedde." }, { "english": "Their mathematics teacher was replaced yesterday by the new teacher.", "luganda": "Baafunye omusomesa w'okubala omupya jjo." }, { "english": "He wrote a fake story about her father resigning from the company.", "luganda": "Yawandiika eby'obulimba nti taata we yali alekulidde omulimu gwa kampuni." }, { "english": "The police spoke to the reporters.", "luganda": "Poliisi yayogera ne bannamawulire." }, { "english": "The company transferred her to their office in Mbale.", "luganda": "Kampuni yamukyusa n'emuzza mu ofiisi y'e Mbale." }, { "english": "He couldn't afford to pay his tuition.", "luganda": "Yali tasobola kwesasulira bisale bya yunivasite." }, { "english": "The deadline for applying for the scholarship program is today.", "luganda": "Leero ye nsalesale y'okwewandiisa okufuna sikaala." }, { "english": "She asked for a dead year from school because her mother had died.", "luganda": "Yasaba omwaka gwe ogwo gusazibwemu olw'okuba maama we yali afudde." }, { "english": "She is twelve years old.", "luganda": "Alina emyaka kkumi n'ebiri egy'obukulu." }, { "english": "He is not behaving in a normal way.", "luganda": "Teyeeyisa mu ngeri ya bulijjo." }, { "english": "There are preachers all over the university today.", "luganda": "Ababuulizi bangi ku yunivasite leero." }, { "english": "My sister isn't pregnant due to infertility.", "luganda": "Muganda wange tali lubuto olw'okuba mugumba." }, { "english": "His infertility was due to a health problem.", "luganda": "Obulwadde bwe bwamuleetera okuba omugumba." }, { "english": "He was accused of murdering his neighbor.", "luganda": "Baamulumiriza okutta muliraanwa we." }, { "english": "Some locals suggested that the police arrest him for the robbery.", "luganda": "Abatuuze abamu baagamba poliisi nti emukwate olw'okubba." }, { "english": "She criticized some lawyers for putting money before justice.", "luganda": "Yanenya balooya abamu olw'okukulembeza ssente mu kifo ky'obwenkanya." }, { "english": "Some lawyers defend clients who are guilty simply because they have money.", "luganda": "Balooya abamu bawolereza abantu abazza emisango olw'okuba abantu abo balina ssente." }, { "english": "His lawyer withdrew from the case after receiving a bribe from the defendant.", "luganda": "Looya we yalekera awo okumuwolereza oluvannyuma lw'okufuna ssente okuva eri oyo eyawawabirwa." }, { "english": "Changing your name without an oath can lead to inconsistencies in your documents.", "luganda": "Okukyusa erinnya lyo nga toyise mu mitendera mituufu kiyinza okuviirako ebiwandiiko byo obutakwatagana." }, { "english": "Some people are changing their names nowadays because there is no law against it.", "luganda": "Abantu abamu ennaku zino bakyusa amannya gaabwe olw'okuba tewali tteeka likigaana." }, { "english": "There should be a legal procedure for one to change their name.", "luganda": "Wateekwa okubaawo emitendera egirina okuyitibwamu mu mateeka omuntu nga tannakyusa linnya lye." }, { "english": "The discovery of oil in our area has provided jobs for the youth.", "luganda": "Okuzuula amafuta mu kitundu kyaffe kiwadde abavubuka emirimu." }, { "english": "The government has built a new market in our district.", "luganda": "Gavumenti ezimbye akatale akapya mu disitulikiti yaffe." }, { "english": "Beekeeping has been a good source of income for my family.", "luganda": "Okulunda enjuki kusobozesezza amaka gaffe okufuna ssente." }, { "english": "Parents are encouraged to teach their children basic manners before sending them to school.", "luganda": "Abazadde bakubirizibwa okuyigiriza abaana baabwe empisa ezisookerwako nga tebannabatwala ku ssomero." }, { "english": "Teaching children how to behave before sending them to schools helps them socialize better.", "luganda": "Okuyigiriza abaana empisa nga tebannabatwala ku ssomero kibayamba okukolagana obulungi n'abalala." }, { "english": "I attended university for five years to become a doctor.", "luganda": "Nnamala emyaka ettaano nga nsoma ku yunivasite nga sinnafuuka musawo." }, { "english": "Primary school has always been seven years in total.", "luganda": "Emyaka omuntu gy'amala mu pulayimale gibaddenga musanvu." }, { "english": "I think children should start primary one at five years of age.", "luganda": "Ndowooza nti abaana banditandise okusoma pulayimale nga ba myaka etaano." }, { "english": "She died in a car accident that occurred this morning.", "luganda": "Yafiiridde mu kabenje akaaguddewo enkya ya leero." }, { "english": "The driver lost control of the bus because he was driving while drunk.", "luganda": "Bbaasi yalemeredde omugoba waayo olw'okuba yabadde atamidde." }, { "english": "The manager wanted to know how much the customer paid for the dress.", "luganda": "Maneja yabadde ayagala kumanya ssente mmeka omuguzi ze yasasulidde ekiteeteeyi." }, { "english": "The locals are complaining because they did not receive the compensation promised to them.", "luganda": "Abatuuze beemulugunya kubanga tebaaliyirirwa nga bwe baali basuubiziddwa." }, { "english": "He won the wrestling championship belt.", "luganda": "Yawangula omusipi gw'omuzannyo gw'ekigwo." }, { "english": "He was the fastest runner in the cross country race.", "luganda": "Ye muddusi eyasinze mu misinde mubuna byalo." }, { "english": "Our team was selected to represent the district at the national soccer league.", "luganda": "Ttiimu yaffe yalondebwa okukiikirira disitulikiti yaffe mu liigi y'eggwanga." }, { "english": "He was arrested without a warrant.", "luganda": "Yakwatibwa nga tebakkiriziddwa kumukwata." }, { "english": "Some politicians do not keep the promises they make during campaigns.", "luganda": "Bannabyabufuzi abamu tebatuukiriza bisuubozo bye baba bakoze nga banoonya akalulu." }, { "english": "Some officials ask for money before they work on you.", "luganda": "Abakungu abamu basooka kukusaba ssente nga tebannakukolako." }, { "english": "The employees complained about the manager to the board of directors.", "luganda": "Abakozi beemulugunya ku maneja eri akakiiko ka badayirekita." }, { "english": "She was arrested for fraud.", "luganda": "Yakwata olw'obukumpanya." }, { "english": "He was released because there is no evidence that he stole the money.", "luganda": "Yateebwa olw'okuba tewali bujulizi bulaga nti yabba ssente." }, { "english": "Some officers hide evidence while at crime scenes which disorganizes investigations.", "luganda": "Abasirikale abamu bakweka obujulizi nga bali mu kifo awazzibwa omusango ekitataaganya okunoonyereza." }, { "english": "Officers should wear gloves at crime scenes so that they do not spoil evidence.", "luganda": "Abasirikale basaanidde okwambala giraavu nga bali mu bifo awazzibwa omusango baleme okwonoona obujulizi." }, { "english": "The government needs more land to settle the ever-increasing number of refugees.", "luganda": "Gavumenti yeetaaga ettaka eddala aw'okuteeka abanoonyi b'obubudamu abeeyongera buli kiseera." }, { "english": "There are more refugees than the district can sustain at the moment.", "luganda": "Abanoonyi b'obubudamu bayitiridde obungi mu disitulikiti." }, { "english": "She was demoted to assistant manager because of poor attitude with clients.", "luganda": "Yazzibwa mu kifo ekya wansiko eky'omuyambi wa maneja olw'okuba yali takwata bulungi bakasitoma." }, { "english": "She has been appointed prime minister of Uganda.", "luganda": "Yalondebwa ku kifo kya ssabaminisita wa Uganda." }, { "english": "She is very happy about her new job.", "luganda": "Musanyufu nnyo olw'omulimu omupya gwe yafuna." }, { "english": "My brother was arrested on Sunday.", "luganda": "Muganda wange yakwatibwa ku Ssande." }, { "english": "He has witnesses to prove that he is innocent and must be set free.", "luganda": "Alina abajulizi abakakasa nti talina musango era nti alina okuteebwa." }, { "english": "Corruption and unemployment are the most common problems in Uganda.", "luganda": "Obulyi bw'enguzi n'ebbula ly'emirimu bye bizibu ebisinga mu Uganda." }, { "english": "The government promised to distribute hoes to the farmers.", "luganda": "Gavumenti yasuubiza okuwa abalimi enkumbi." }, { "english": "She was released from prison this afternoon.", "luganda": "Yasumuluddwa okuva mu kkomera olw'eggulo lwa leero." }, { "english": "She was seen entering a white pickup last evening.", "luganda": "Yalabiddwa ng'ayingira pikapu enjeru akawungeezi k'eggulo." }, { "english": "He criticized his colleague for picking fights with other employees.", "luganda": "Yalumiriza mukozi munne olw'okutandika entalo n'abakozi abalala." }, { "english": "He quit the football team.", "luganda": "Yavudde mu ttiimu y'omupiira." }, { "english": "In our company the punishment for fraud is losing one's job.", "luganda": "Mu kampuni yaffe ekibonerezo eky'obukumpanya kuba kufiirwa mulimu gwo." }, { "english": "He has embarrassed his family with his drinking habits.", "luganda": "Aswazizza ab'omu maka ge olw'etamiiro." }, { "english": "They discovered that the fire started because the candle fell on the bed.", "luganda": "Baakizuula nti omuliro gwava ku musubaawa ogwaggwa ku buliri." }, { "english": "There was more damage in the bedroom because the fire started from there.", "luganda": "Ekisenge kyayonooneka nnyo olw'okuba omuliro gye gwatandikira." }, { "english": "Two officers died in the accident last night.", "luganda": "Abasirikale babiri bafiiridde mu kabenje jjo ekiro." }, { "english": "She died of malaria.", "luganda": "Yafudde musujja gwa nsiri." }, { "english": "The mayor died of tuberculosis.", "luganda": "Meeya yafudde kafuba." }, { "english": "Some employees lost their jobs when the company reorganized the branch staff.", "luganda": "Abakozi abamu baafiirwa emirimu gyabwe kampuni bwe yakyusakyusa mu bakozi baayo." }, { "english": "She has been appointed the new spokesperson of the party.", "luganda": "Yalondeddwa okuba omwogezi w'ekibiina omugya." }, { "english": "I took over the position of company director from my father.", "luganda": "Nnaddira taata wange mu bigere ku kifo kya dayirekita wa kampuni." }, { "english": "We won the match against the neighboring school last month.", "luganda": "Twawangula essomero eryali lituliraanye mu mpaka z'omupiira omwezi oguwedde." }, { "english": "They won the match by two goals in the finals.", "luganda": "Baawangula ne goolo bbiri mu mpaka zaakamalirizo." }, { "english": "There are two different companies with the same business name which confuses clients.", "luganda": "Waliwo kampuni bbiri ezirina erinnya lya bizineesi lye limu ekibuzaabuza bakasitoma." }, { "english": "Registering your business can help you get more customers because you're genuine.", "luganda": "Okuwandiisa bizineesi yo kisobola okukuyamba okufuna bakasitoma bangi kubanga kiba kiraga nti oli w'amazima." }, { "english": "I own a hair salon in my neighborhood.", "luganda": "Nnina saaluni mu kitundu kyange." }, { "english": "My sister was the best candidate in the entire district last year.", "luganda": "Muganda wange ye muyizi eyasinga mu disitulikiti yonna omwaka oguwedde." }, { "english": "She was unwell during the examination period but she still passed the exams.", "luganda": "Yali mulwaddelwadde mu kiseera ky'ebigezo naye era yayita ebigezo." }, { "english": "Many families are celebrating across the country.", "luganda": "Amaka mangi gajaguza okwetooloola eggwanga." }, { "english": "She has withdrawn the harassment case against her boss.", "luganda": "Aggyeeyo omusango ogw'okutulugunyizibwa mukama we." }, { "english": "The office will not be open for the next five days.", "luganda": "Ofiisi tejja kugulwa okumala ennaku ttaano ezijja." }, { "english": "My friend was arrested this morning.", "luganda": "Mukwano gwange yakwatiddwa ku makya g'olwa leero." }, { "english": "She is being accused of stealing money from the company.", "luganda": "Alumirizibwa okubba ssente okuva mu kampuni." }, { "english": "They were released from jail yesterday.", "luganda": "Jjo baateereddwa okuva mu kkomera." }, { "english": "The government wants its case to be judged by the international court.", "luganda": "Gavumenti eyagala omusango gwayo guwozesebwe mu kkooti y'ensi yonna." }, { "english": "The judge released him after his bail had been paid.", "luganda": "Omulamuzi yamusumuludde oluvannyuma lw'okusasula ssente ez'akakalu ka kkooti ezamusalirwa." }, { "english": "The students performed better than they did the last term.", "luganda": "Abayizi baakoze bulungi okusinga bwe baakola ttaamu ewedde." }, { "english": "The performance in this year's examination is the best the school has recorded.", "luganda": "Obubonero bw'ebigezo by'omwaka guno bwe bukyasinzeeyo obulungi essomero lye bwali bufunye." }, { "english": "They broke tables in the school and started a strike against the teachers.", "luganda": "Baamenya emmeeza mu ssomero era ne batandika okwekalakaasiza ku basomesa." }, { "english": "The trial has been postponed to next week.", "luganda": "Okuwozesebwa kwongeddwayo wiiki ejja." }, { "english": "He has been found guilty of stealing from his neighbor's house.", "luganda": "Azuuliddwa nga yazza omusango gw'okubba mu nnyumba ya muliraanwa we." }, { "english": "I will never buy anything from that shop again.", "luganda": "Siriddamu kugula kintu kyonna kuva mu dduuka eryo." }, { "english": "The soccer league starts this Friday.", "luganda": "Liigi y'omupiira etandika Lwakutaano luno." }, { "english": "The game ended in a draw.", "luganda": "Omuzannyo gwawedde nga bagudde maliri." }, { "english": "The schedule for this year's football matches has been released.", "luganda": "Enteekateeka y'empaka z'omupiira gw'omwaka guno efulumiziddwa." }, { "english": "A new road has been constructed in my village.", "luganda": "Bakoze oluguudo olupya mu kyalo kyange." }, { "english": "Roadworks are causing a lot of traffic jam in the city.", "luganda": "Emirimu egikolebwa ku nguudo gireeseewo jaamu mungi mu kibuga." }, { "english": "Repairing the roads eases the movement of vehicles and reduces the occurrence of accidents.", "luganda": "Okuddaabiriza enguudo kikendeeza ku jaamu ne ku bubenje." }, { "english": "The district commissioner and his assistant are arguing over the budget needed for roadwork.", "luganda": "Kamisona wa disitulikiti n'omuyambi we basikagana omuguwa ku bajeti eyeetaagibwa okukola enguudo." }, { "english": "The party leaders have failed to agree on a date for the elections.", "luganda": "Abakulembeze b'ebibiina balemereddwa okukkaanya ku nnaku z'omwezi okulonda we kunaabeererawo." }, { "english": "The disagreement among the leaders has obstructed plans for the construction of the market.", "luganda": "Obutakkaanya obuli wakkati w'abakulembeze butataaganyiza enteekateeka z'okuzimba akatale." }, { "english": "Some people are using electricity illegally without a formal connection.", "luganda": "Abantu abamu bakozesa amasanyalaze nga tebayise mu mitendera emituufu." }, { "english": "Their house caught fire because the electrical wires were connected illegally and poorly.", "luganda": "Ennyumba yaabwe yakwata omuliro olw'okuba waya z'amasanyalaze zaali zisibiddwa bubi era nga tebaayita mu mitendera emituufu." }, { "english": "Our meeting at the ministry was postponed because of the pandemic.", "luganda": "Olukungaana lwaffe mu kitongole lwayongezebwayo olw'ekirwadde." }, { "english": "The organization will fall if all employees don't work together.", "luganda": "Ekibiina kijja kugwa abakozi bonna bwe batakolera wamu." }, { "english": "The bank paid back the money that was deducted from my account.", "luganda": "Bbanka yasasula ssente ezaali zaggibwa ku akawunta yange." }, { "english": "He is not qualified to be the new head of the organization.", "luganda": "Talina bisaanyizo by'okuba omukulembeze w'ekibiina omugya." }, { "english": "All farmers should register their land with the land committee.", "luganda": "Abalimi bonna basaanidde okuwandiisa ettaka lyabwe n'akakiiko akakola ku by'ettaka." }, { "english": "Pruning coffee trees allows them to grow new branches with more fruits.", "luganda": "Okusalira emmwanyi kiziyamba okuleeta amatabi amalala era ne zibala emmwanyi nnyingi." }, { "english": "The government distributed coffee seeds to farmers in my village.", "luganda": "Gavumenti yagabira abalimi b'omu kyalo kyange ensigo z'emmwanyi." }, { "english": "We shall sing the national anthem before the ceremony begins.", "luganda": "Tujja kuyimba oluyimba lw'eggwanga ng'omukolo tegunatandika." }, { "english": "He is sorry for questioning the boss' orders.", "luganda": "Yeetonze olw'obutakkiririzaawo ebyo mukama we bye yalagidde." }, { "english": "He has apologized for raising his voice at her during the meeting.", "luganda": "Yeetonze olw'okumuboggolera mu lukungaana." }, { "english": "The government allocated little money to the agriculture sector.", "luganda": "Gavumenti etadde ssente ntono nnyo mu by'obulimi." }, { "english": "Our cow died after being given fake dewormers yesterday.", "luganda": "Ente yaffe yafudde jjo oluvannyuma lw'okugiwa eddagala ly'ebiwuka erikyupule." }, { "english": "She is very disappointed that she did not get the promotion at work.", "luganda": "Yaweddemu nnyo amaanyi olw'okuba teyakuziddwa ku mulimu." }, { "english": "No action was taken despite the several complaints raised against him.", "luganda": "Tewali kyakolebwa wadde nga waaliwo okwemulugunya kungi ku ye." }, { "english": "She was among the suspects in the fraud case.", "luganda": "Yali omu ku abo abateeberebwa okuzza omusango gw'obukumpanya." }, { "english": "He doesn't make decisions about the company anymore.", "luganda": "Takyasalirawo kampuni by'erina kukola." }, { "english": "There are going to be some changes in this organization.", "luganda": "Wagenda kubaawo enkyukakyuka ezimu ku kibiina kino." }, { "english": "She is the first female president of the country.", "luganda": "Ye pulezidenti w'eggwanga omukazi asoose." }, { "english": "She was elected the new vice-chairperson of the company.", "luganda": "Yalondebwa okuba omumyuka wa ssentebe wa kampuni omugya." }, { "english": "She narrated the whole trip to her friends.", "luganda": "Yabuulira mikwano gye olugendo lwonna bwe lwali." }, { "english": "The company pays taxes of fifty million Ugandan shillings per year.", "luganda": "Kampuni esasula omusolo gwa bukadde ataano eza Uganda buli mwaka." }, { "english": "We held a meeting with the supplier to confirm the delivery.", "luganda": "Twakola olukungaana n'abatuwa ebintu okukakasa nti baabituwa." }, { "english": "It is very hot in Dubai.", "luganda": "E Dubai wookya nnyo." }, { "english": "We contributed ten million Ugandan shillings towards the school sports day.", "luganda": "Twawaayo obukadde kkumi eza Uganda okuwagira olunaku lw'eb'emizannyo by'essomero." }, { "english": "The government has released some money to support the footballers.", "luganda": "Gavumenti ewaddeyo ssente ezimu okuwagira abazannyi b'omupiira." }, { "english": "She has disobeyed the boss' rule.", "luganda": "Ajeemedde ekiragiro kya mukama we." }, { "english": "We are challenging the new rule that says all employees will not be given lunch.", "luganda": "Tuwakanya etteeka erigya erigamba nti abakozi bonna tebajja kuweebwa kyamisana." }, { "english": "He is still in prison.", "luganda": "Akyali mu kkomera." }, { "english": "I took responsibility for my brother's crime and paid the fine.", "luganda": "Nnatwala obuvunaanyizibwa bw'omusango muganda wange gwe yazza era ne nsasula ssente ezamutanzibwa." }, { "english": "She represented him in court despite knowing that the land belongs to the widow.", "luganda": "Yamukiikirira mu kkooti wadde nga yali akimanyi nti ettaka lya nnamwandu." }, { "english": "He has been suspended from work for two weeks as the matter is being investigated.", "luganda": "Ayimirizibwa ku mulimu okumala wiiki bbiri ng'omusango bwe gunoonyerezebwako." }, { "english": "A dentist cannot do a heart operation because it's not his or her area of specialty.", "luganda": "Omusawo w'amannyo tasobola kulongoosa mutima kubanga si kye yasomerera." }, { "english": "She withdrew her instructions to have him arrested.", "luganda": "Yagyayo ebiragiro by'okumukwata." }, { "english": "Brokers charge more than the actual price so that they can make some profit.", "luganda": "Ba bbulooka basaba ssente nnyingi okusinga ezirina okusasulwa basobole okukola amagoba." }, { "english": "We are opening up more branches in other parts of the country.", "luganda": "Tuli mu kuggulawo amatabi amalala mu bitundu by'eggwanga ebirala." }, { "english": "She has been promoted to assistant headteacher.", "luganda": "Akuziddwa n'aweebwa ekifo ky'omummyuka w'omukulu w'essomero." }, { "english": "He will take over as chief of defense forces.", "luganda": "Y'agenda okuddawo ng'omukulu w'amagye." }, { "english": "My father is a general in the army.", "luganda": "Taata wange genero mu magye." }, { "english": "Some people report to bosses who are younger than them.", "luganda": "Abantu abamu baloopa bakama baabwe abato ku bo." }, { "english": "These days many farmers in Uganda have adopted commercial farming.", "luganda": "Ennaku zino abalimi bangi mu Uganda balima emmere ey'okutunda." }, { "english": "Owning small businesses has empowered women and helped them escape poverty.", "luganda": "Okuba ne bubizineesi obutonotono kiwadde abakazi amaanyi era kibayambye okuva mu bwavu." }, { "english": "The government has revised several parts of the constitution over the years.", "luganda": "Emyaka bwe gizze giyitawo gavumenti ekoze enoongosereza mu ssemateeka." }, { "english": "We are voting for the new village chairperson this morning.", "luganda": "Olwa leero ku makya tulonda ssentebe w'ekyalo omugya." }, { "english": "My brother is one of the newly appointed army generals.", "luganda": "Muganda wange y'omu ku bagenero b'amagye abagya abalondeddwa." }, { "english": "He is the youngest employee in the office.", "luganda": "Ye mukozi asinga obuto mu ofiisi." }, { "english": "We bring you the life story of the head of the army.", "luganda": "Tukuleetedde ebikwata ku bulamu bw'omukulu w'amagye." }, { "english": "She criticized her employees for making big decisions without informing her.", "luganda": "Yavunaana abakozi be olw'okukola okusalawo okw'amaanyi nga tebamugambyeko." }, { "english": "She ordered her maid to mop the entire house.", "luganda": "Yalagira omukozi we okusimuula ennyuma yonna." }, { "english": "Children should be taught to wash their hands before eating food.", "luganda": "Abaana balina okuyigirizibwa okunaaba engalo zaabwe nga bagenda okulya mmere." }, { "english": "The children learned how to bake cakes.", "luganda": "Abaana baayiga engeri y'okukolamu keeki." }, { "english": "We wash our hands with soap and water after using the toilet.", "luganda": "Tunaaba engalo zaffe n'amazzi ne ssaabuuni oluvannyuma lw'okukozesa kaabuyonjo." }, { "english": "Teaching children to wash their hands before eating protects them against eating germs.", "luganda": "Okuyigiriza abaana okunaaba engalo nga tebannalya kibayamba okwewala okulya obuwuka obuleeta endwadde." }, { "english": "There is a lot of dust on most roads because of the hot weather.", "luganda": "Enguudo ezisinga obungi ziriko enfuufu olw'okuba omusana mungi." }, { "english": "We have not received any rain this month.", "luganda": "Tetunnafuna nkuba omwezi guno." }, { "english": "The weather is very hot these days.", "luganda": "Ennaku zino akasana kangi." }, { "english": "His bail application has been canceled by the court.", "luganda": "Kkooti esazizaamu okusaba kwe okw'okuteebwa ku kakalu ka kkooti ." }, { "english": "She is being charged for forging the client's signature in the contract.", "luganda": "Avunaanibwa ogw'okujingirira omukono gwa kasitoma mu kontulakiti." }, { "english": "Candidates are not allowed to campaign on the day of voting.", "luganda": "Abeesimbyewo tebakkirizibwa kunoonya kalulu ku lunaku lw'okulonda." }, { "english": "The group is no longer allowed to support any political campaigns.", "luganda": "Ekibinja ekyo tekikyakkirizibwa kuwagira kampeyini za byabufuzi." }, { "english": "He was forced to explain how he got all that money.", "luganda": "Yawalirizibwa okunnyonnyola engeri gye yafunamu ssente ezo zonna." }, { "english": "She reached the office at eight in the morning.", "luganda": "Yatuuka ku ofiisi ku ssaawa bbiri ez'oku makya." }, { "english": "He entered his car and drove off.", "luganda": "Yayingira mu mmotoka ye n'avuga n'agenda." }, { "english": "She spoke to us about the newly constructed village borehole.", "luganda": "Yatubuulira ku nnayikonto empya eyazimbibwa ku kyalo kyabwe." }, { "english": "Most people who did not finish school cannot get jobs in this country.", "luganda": "Abantu abasinga abataamaliriza misomo gyabwe tebasobola kufuna mirimu mu ggwanga lino." }, { "english": "She thinks that she is not good enough to compete for Miss Uganda.", "luganda": "Alowooza nti tasobola kwesimbawo ku bwannalulungi wa Uganda." }, { "english": "I am not a member of that football team.", "luganda": "Siri ku ttiimu y'omupiira eyo." }, { "english": "He started his own business when he got fired from his job.", "luganda": "Bwe yagobebwa ku mulimu yatandikawo bizineesi ye ." }, { "english": "Most people who did not finish school are struggling to make money.", "luganda": "Abantu abasinga abataamaliriza misomo gyabwe bazibuwalirwa okukola ssente." }, { "english": "She fetches water around the village for food.", "luganda": "Akimira abantu ku kyalo amazzi okusobola okufuna emmere." }, { "english": "January is a difficult month because most people are recovering from Christmas spending.", "luganda": "Omwezi gwa Jjanwali guba muzibu nnyo kubanga abantu abasinga baba bava kusaasaanya ssente nnyingi mu bikujjuko bya Ssekukulu." }, { "english": "After the December festive season we flew to Dubai for New year celebrations.", "luganda": "Oluvannyuma lw'ebikujjuko by'omu Ddesemba twalinnya ennyonyi ne tugenda e Dubai okujaguza omwaka omuggya." }, { "english": "She misuses her money on unnecessary things because she doesn't have a budget.", "luganda": "Asaasaanya ssente ku bintu ebiteetaagisa olw'okuba talina mbalirira." }, { "english": "Some of the locals do not have anything to eat.", "luganda": "Abatuuze abamu tebalina mmere." }, { "english": "Most crops dried up because we have not received rain for two months.", "luganda": "Ebirime bingi byakala olw'okuba tumaze emyezi ebiri nga tetufuna nkuba." }, { "english": "The borehole is very far from here.", "luganda": "Nnayikonto eri wala nnyo okuva wano." }, { "english": "We are spending a lot of money on water.", "luganda": "Tusaasaanya ssente nnyingi ku mmazzi." }, { "english": "People no longer fetch water from the well because of the new borehole.", "luganda": "Abantu tebakyakima mazzi ku luzzi olwa nnayikonto empya." }, { "english": "He has been crowned King of that kingdom.", "luganda": "Yatikkirwa okuba kabaka w'obwakabaka obwo." }, { "english": "She only got the promotion because she is related to the boss.", "luganda": "Yakuzibwa ku mulimu olw'okuba alina oluganda ku mukama we." }, { "english": "He has been in jail for three weeks.", "luganda": "Abadde mu kkomera okumala wiiki ssatu." }, { "english": "The land is empty because the owners are not around to develop it.", "luganda": "Ettaka teririna kiriko olw'okuba bannyini lyo tebaliiwo kulikulaakulanya." }, { "english": "The government needs a lot of money to compensate the locals for their land.", "luganda": "Gavumenti yeetaaga ssente nnyingi okusobola okuliyirira abatuuze olw'ettaka lyabwe." }, { "english": "The construction of the new road has displaced many locals from their land.", "luganda": "Oluguudo olupya oluzimbibwa luviiriddeko abantu bangi okuva ku ttaka lyabwe." }, { "english": "We lost a lot of official documents in the fire.", "luganda": "Twafiirwa ebiwandiiko bingi mu muliro." }, { "english": "The water has flooded the bedroom and the sitting room.", "luganda": "Amazzi gaanjadde mu kisenge ne mu ddiiro." }, { "english": "The police are trying to find out what started the fire at the ivory towers.", "luganda": "Poliisi egezaako okunoonyereza ekyaviirako omuliro ogwakwata ebizimbe bya ivory towers." }, { "english": "More farmers are rearing rabbits because they are profitable.", "luganda": "Abalunzi bangi balunda obumyu olw'okuba bulimu ssente." }, { "english": "He is making a lot of money from the retail shop.", "luganda": "Akola ssente nnyingi mu dduuka." }, { "english": "Very few Ugandans eat rabbit meat.", "luganda": "Bannayuganda batono nnyo abalya ennyama y'obumyu." }, { "english": "She is accusing her boss of harassing her at work.", "luganda": "Alumiriza mukama we olw'okumutulugunya ku mulimu." }, { "english": "We have hired a lawyer to represent us in the court case.", "luganda": "Tupangisizza looya ow'okutuwolereza mu musango." }, { "english": "She qualified for the international golf competition.", "luganda": "Yayiseemu okugenda mu mpaka z'omuzannyo gwa goofu ez'ensi yonna." }, { "english": "They scored a goal within the first two minutes of the match.", "luganda": "Baateebye goolo mu ddakiika ebbiri ezisooka ez'omupiira." }, { "english": "He is going to be one of the best footballers in the country.", "luganda": "Agenda kuba omu ku basambi b'omupiira abakyasinze mu ggwanga." }, { "english": "The members are not in support of the new party regulations.", "luganda": "Bamemba tebawagira biragiro bya kibiina bipya." }, { "english": "There are six candidates in the race for president.", "luganda": "Abantu mukaaga be beesimbyewo ku kifo ky'obwa pulezidenti." }, { "english": "He gave his employees Christmas bonuses for their hard work.", "luganda": "Yawa abakozi be akasiimo ka Ssekkukulu olw'okukola ennyo." }, { "english": "All employees are paid salaries for the work they do in the organization.", "luganda": "Abakozi bonna basasulwa emisaala olw'emirimu gye bakola mu kibiina." }, { "english": "There should be strict rules against the illegal mining of oil.", "luganda": "Walina okubaawo amateeka amakakkali agakwata ku kusima amafuta mu ngeri emenya amateeka." }, { "english": "We defeated their team in the netball semifinals.", "luganda": "Twakuba ttiimu yaabwe mu mpaka z'okubaka eziddirira ez'akamalirizo." }, { "english": "They scored more goals in the second half of the game.", "luganda": "Baateeba goolo nnyingiko mu kitundu ky'omuzannyo eky'okubiri." }, { "english": "We all predicted that the visiting team will win the match today.", "luganda": "Ffenna tulowooza nti ttiimu ekyadde y'ejja okuwangula omupiira leero." }, { "english": "We won the interschool football championship.", "luganda": "Twawangula empaka z'omupiira ez'amasomero." }, { "english": "More refugees are coming into the country every day.", "luganda": "Abanoonyi b'obubudamu bangi bayingira mu ggwanga buli lunaku." }, { "english": "She donated several clothes and food to the orphans.", "luganda": "Yawa bamulekwa engoye nnyingi n'emmere nnyingi." }, { "english": "We sent our donation to the orphanage via mobile money.", "luganda": "Twasindika ssente ze twawaayo eri bamulekwa nga tukozesa mobile money." }, { "english": "The hospital is holding a blood donation drive this Saturday.", "luganda": "Ku Lwomukaaga luno eddwaliro ligenda kuteekawo okugaba omusaayi okw'ekikungo." }, { "english": "She has been transferred to another hospital.", "luganda": "Atwaliddwa mu ddwaliro eddala." }, { "english": "There is a meeting between the two presidential candidates.", "luganda": "Waliwo olukungaana wakati w'abeesimbyewo ku bwa pulezidenti ababiri." }, { "english": "She was willing to have a meeting with her opponent.", "luganda": "Yali mwetegefu okusisinkana ne gw'avuganya naye." }, { "english": "He has a meeting with the manager to discuss his future with the company.", "luganda": "Alina olukungaana ne maneja we okwogera ku biseera bye eby'omu maaso ebikwata ku kampuni." }, { "english": "The political leaders have agreed that the country should have free and fair elections.", "luganda": "Abakulembeze b'eby'obufuzi bakkiriziganyizza nti eggwanga lisaanidde okuba n'okulonda okw'amazima n'obwenkanya." }, { "english": "Buying a helicopter was on the budget for this financial year.", "luganda": "Okugula ennyonyi nnamunkanga kyali mu mbalirira y'omwaka gw'eby'enfuna guno." }, { "english": "The government does not have money to fund new projects.", "luganda": "Gavumenti terina ssente za kuteeka mu projekiti mpya." }, { "english": "University research projects have been funded by the government.", "luganda": "Okunoonyereza okukolebwa Yunivasite gavumenti ekutaddemu ssente." }, { "english": "Kickboxing has many boxing levels.", "luganda": "Omuzannyo gw'ebikonde ogw'ensambagere gulimu emitendera mingi." }, { "english": "The government has encouraged the use of other alternative sources of energy like solar.", "luganda": "Gavumenti ekubirizza abantu okukozesa amasanyalaze ag'engeri endala gamba nga aga'maanyi g'enjuba." }, { "english": "The government has allocated funds to extend electricity to rural areas.", "luganda": "Gavumenti etaddewo ssente ez'okutuusa amasanyalaze mu bitundu eby'omu byalo." }, { "english": "East African countries should reduce the rate at which they are borrowing.", "luganda": "Ensi z'omu East Africa zirina okukendeeza ku kigero kye zeewolerako ssente." }, { "english": "There are high levels of industrialization in East Africa.", "luganda": "Amakolero gatutumuse nnyo mu East Africa." }, { "english": "The church is a peaceful place.", "luganda": "Ekkanisa kifo kya mirembe." }, { "english": "Parents should take care of their children.", "luganda": "Abazadde basaanidde okulabirira abaana baabwe." }, { "english": "The Judiciary has incurred a lot of expenses through renting court premises.", "luganda": "Ekitongole ekiramuzi kisaasanyiza ssente nnyingi nnyo mu kupangisa ebifo ebibeeramu kkooti." }, { "english": "The police doesn't allow unlawful political rallies.", "luganda": "Poliisi tekkiriza nkungaana z'eby'obufuzi ezimenya amateeka." }, { "english": "Some people don't have confidence in courts of law.", "luganda": "Abantu abamu tebalina bwesige mu kkooti z'amateeka." }, { "english": "Men should meet the basic needs of their families.", "luganda": "Abaami basaanidde okukola ku byetaago by'ab'omu maka gaabwe." }, { "english": "The world economy has been affected by the pandemic.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kitaataaganyizza eby'enfuna by'ensi yonna." }, { "english": "The government should provide for vulnerable people.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okulabirira abantu abankuseere." }, { "english": "The government should plan properly for its people.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okuteekateekera obulungi abantu baayo." }, { "english": "The legislature has a duty of making laws in the country.", "luganda": "Palamenti erina obuvunaanyizibwa obw'okukolera eggwanga amateeka." }, { "english": "Candidates should follow specific rules and regulations.", "luganda": "Waliwo obulagirizi n'amateeka abeesimbyewo bye balina okugoberera." }, { "english": "Trade unions provide market to the products of their members.", "luganda": "Ebibiina by'obusuubuzi bifunira bamemba baabyo obutale gye batundira eby'amaguzi byabwe." }, { "english": "Competent people should be recruited in positions of leadership.", "luganda": "Abantu abalina obumanyirivu basaanidde okuweebwa omulimu gw'okukulembera abalala." }, { "english": "Workers' unions can acquire finances for their members.", "luganda": "Ebibiina by'abakozi bisobola okufunira bamemba baabyo ssente." }, { "english": "Cancer is one of the most dangerous diseases in the world.", "luganda": "Kookolo kye kimu ku birwadde ebisingayo okuba eby'omutawaana mu nsi." }, { "english": "Cancer treatment is expensive.", "luganda": "Kyetaagisa ssente nnyingi nnyo okujjanjaba ekirwadde kya kookolo." }, { "english": "Most of the youths are unemployed.", "luganda": "Abavubuka abasinga obungi tebalina mirimu." }, { "english": "Farmers should embrace better farming methods.", "luganda": "Abalimi n'abalunzi basaanidde okugoberera enkola ennungi ey'okulima n'okulunda." }, { "english": "The government compensated people who were displaced because of the recent oil discovery.", "luganda": "Gavumenti yaliyirira abantu abaataataaganyizibwa olw'amafuta agaazuulibwa gye buvuddeko awo." }, { "english": "An unfavorable climate discourages agricultural activities.", "luganda": "Embeera y'obudde etali nnungi eremesa abantu okwenyigira mu by'okulima." }, { "english": "The government has constructed more health facilities around the country.", "luganda": "Gavumenti eyongedde okuzimba amalwaliro okwetooloola eggwanga lyonna." }, { "english": "People evicted from the land should be compensated.", "luganda": "Abantu abawalirizibwa okuva ku ttaka lyabwe basaanidde okuliyiribwa." }, { "english": "The government provides elders with twenty thousand shillings every month.", "luganda": "Gavumenti ewa bannamukadde emitwalo ebiri buli mwezi." }, { "english": "Leaders in South Sudan are working hard to solve people's problems.", "luganda": "Abakulembeze mu South Sudan bakola butaweera okugonjoola ebizibu by'abantu." }, { "english": "There are political instabilities in some countries neighboring Uganda.", "luganda": "Walwio obutali butebenkevu mu by'obufuzi mu mawanga agamu agaliraanye Uganda." }, { "english": "Culture should be respected by political leaders.", "luganda": "Abakulembe b'ebibiina by'obufuzi basaanidde okussa ekitiibwa mu buwangwa." }, { "english": "More youths have benefitted from the government projects.", "luganda": "Abavubuka bangi baganyuddwa mu pulojekiti za gavumenti." }, { "english": "Most of the people are poorly paid.", "luganda": "Abantu abasinga obungi basasulwa bubi." }, { "english": "Pastoralists should stop grazing their animals on people's land.", "luganda": "Abalaalo basaanidde okulekera awo okulundira ebisolo byabwe mu ttaka ly'abantu." }, { "english": "Every country has a right to protect its dignity", "luganda": "Buli ggwanga lirina ebbeetu okukuuma ekitiibwa kyalyo." }, { "english": "Elections should always be peaceful.", "luganda": "Okulonda kusaanidde kuba kwa mirembe." }, { "english": "Uganda does not involve itself in issues of other countries.", "luganda": "Uganda teyeenyigira mu nsonga z'amawanga amalala." }, { "english": "Uganda is represented in East Africa's legislative assembly.", "luganda": "Uganda ekiikirirwa mu lukiiko olukulu olwa East Africa." }, { "english": "The media center is headed by the government spokesperson.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'amawulire kikulirwa omwogezi wa gavumenti." }, { "english": "The United States of America has several democratic values.", "luganda": "Amerika erina ebintu bingi ebitumbula demokulasiya." }, { "english": "Local council elections were filled with a lot of confusion.", "luganda": "Okulonda abakulembeze b'ebyalo kwalimu emivuyo mingi nnyo." }, { "english": "Opposition political parties should present one candidate in the general elections.", "luganda": "Ebibiina ebiri ku ludda oluvuganya gavumenti bisaanidde okusimbawo omuntu omu mu kulonda kwa bonna." }, { "english": "The government has attracted foreign investors.", "luganda": "Gavumenti esikirizza bamusigansimbi abagwiira bangi." }, { "english": "Without power industries cannot operate.", "luganda": "Bwe watabaawo masanyalaze amakolero tegayinza kukola." }, { "english": "Ugandans need to have an efficient and effective power supply.", "luganda": "Bannayuganda basaanidde okuba n'amasanyalaze ageesigika." }, { "english": "The kickboxing federation will solicit more funds from the government.", "luganda": "Ekibiina ky'abakubi b'ebikonde eby'ensambagere bijja kwongera okusaka ssente okuva mu gavumenti." }, { "english": "More kickboxing training centers have been established in the country.", "luganda": "Wateereddwawo ebifo ebirala mu ggwanga gye banaatendekeranga abakubi b'ebikonde eby'ensambagere." }, { "english": "People have a passion for sports.", "luganda": "Abantu baagala nnyo eby'emizannyo." }, { "english": "Sports is an income-generating activity.", "luganda": "Emizannyo givaamu ssente." }, { "english": "Football academies give footballers basic knowledge in sports entertainment.", "luganda": "Amasomero agatendeka abazannyi b'omupiira gasobozesa abazannyi okufuna okumanya okukwata ku muzannyo ogwo." }, { "english": "The government aims at reducing the costs of administration.", "luganda": "Gavumenti erina ekiruubirirwa eky'okukendeeza ku ssente ezisasulwa abakulembeze." }, { "english": "Most of the public servants want salary increments.", "luganda": "Abakozi abasinga obungi baagala emisaala gyabwe gyongezebweko." }, { "english": "The government has increased taxes on alcohol.", "luganda": "Gavumenti erinyisizza omusolo oguggibwa ku mwenge." }, { "english": "Alcoholism has brought about issues related to domestic violence.", "luganda": "Ettamiiro liviiriddeko ebikolwa bingi ebyekuusa ku butabanguko mu maka." }, { "english": "Some people in rural areas are alcoholics.", "luganda": "Abantu abamu mu byalo batamiivu." }, { "english": "Policemen are disciplined through the Police Standards Unit.", "luganda": "Abapoliisi bakangavvulwa okuyitira mu kitongole kyabwe ekiyitibwa Police Standards Unit." }, { "english": "The government should increase the salaries of security officers.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okwongeza omusaala gw'ab'eby'okwerinda." }, { "english": "The government should increase the police budget.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okulinyisa embalirira ya poliisi." }, { "english": "The government has increased agricultural output through National Agricultural Advisory Services.", "luganda": "Okuyitira mu kitongole ekiyitibwa National Agricultural Advisory Services gavumenti eyongedde ku bungi bw'ebintu ebikozesebwa mu kulima." }, { "english": "Farmers need access to improved seed varieties.", "luganda": "Abalimi beetaaga okuba n'obusobozi bw'okufuna ensigo ezirongoseddwamu." }, { "english": "Farmers use herbicides to kill weeds from the garden.", "luganda": "Abalimi bakozesa eddagala okutta omuddo mu nnimiro." }, { "english": "Uganda should export good quality agricultural products.", "luganda": "Ebirime Uganda by'ettunda ebweru w'eggwanga bisaanidde okuba ku mutindo omulungi." }, { "english": "Some children in rural areas are affected by early marriages.", "luganda": "Abaana abamu mu byalo bafumbirwa nga bakyali bato." }, { "english": "Regional governments receive conditional grants from the government.", "luganda": "Gavumenti ez'ebitundu zifuna obuyamba okuva mu gavumenti." }, { "english": "The central government increased the youth livelihood fund.", "luganda": "Gavumenti eya wakati yayongeza ku bungi bwa ssente eziweebwaa abavubuka okwekulaakulanya." }, { "english": "You have to belong to a savings group to receive money from the government.", "luganda": "Olina okubaako ekibiina mw'oli okusobola okufuna ssente okuva mu gavumenti." }, { "english": "Some countries protect local companies from foreign competition.", "luganda": "Ensi ezimu ziwa obukuumi kampuni za bannansi ne zitavuganyizibwa ezo eziva ebweru w'eggwanga." }, { "english": "Most of the Ugandans are employed by the Agricultural sector.", "luganda": "Bannayuganda abansinga obungi bakozesebwa mu kitongole ky'eby'obulimi." }, { "english": "Ugandans should always have a balanced diet.", "luganda": "Bannayuganda basaanidde okulya obulungi." }, { "english": "Uganda Airlines resumed its operations.", "luganda": "Ennyonyi ya Uganda yaddamu okukola." }, { "english": "Pilots get a competitive salary.", "luganda": "Abavuzi b'ennyonyi basasulwa bulungi." }, { "english": "Journalists should always be neutral and honest.", "luganda": "Bannamawulire tebalina kubaako ludda lwe bawagira era basaanidde okuba abeesimbu." }, { "english": "Policemen should be patriotic.", "luganda": "Abapoliisi basaanidde okwenyigira mu by'obufuzi." }, { "english": "The police spokesperson said that the police will carry out investigations.", "luganda": "Omwogezi wa poliisi yagambye nti poliisi ejja kukola okunoonyereza." }, { "english": "People who are given guns should be mentally and psychologically stable.", "luganda": "Abantu abaweebwa emmundu basaanidde okuba nga bategeera bulungi." }, { "english": "The President rewards people who give exceptional services to the country.", "luganda": "Pulezidenti awa ebirabo abantu ababa basukulumye ku balala mu mpeereza yaabwe mu ggwanga." }, { "english": "Uganda Revenue Authority collects taxes on behalf of the government.", "luganda": "Ekitongole kya Uganda eky'eby'emisolo kikunganyiza gavumenti emisolo." }, { "english": "The government has instruments in place intended to fight corruption.", "luganda": "Gavumenti erina enkola ezitali zimu z'ekozesa okulwanyisa obuli bw'enguzi." }, { "english": "The Uganda National Examinations Board is under the Ministry of Education and Sports.", "luganda": "Ekitongole ky'ebigezo mu Uganda kiri wansi wa minisitule y'eby'enjigiriza n'emizannyo." }, { "english": "Private schools should stop engaging in examination malpractices.", "luganda": "Amasomero g'obwannanyini gasaanidde okulekera awo okwenyigira mu bikolwa eby'okubba ebigezo." }, { "english": "National students' examination results are released by the Uganda National Examinations Board.", "luganda": "Ebiba buvudde mu bigezo ebyakolebwa abaana bw'eggwanga bifulumizibwa ekitongole ky'ebigezo ekiyitibwa Uganda National Examinations Board." }, { "english": "Kisoro has many tourist activities.", "luganda": "Mu Kisoro eriyo ebifo bingi eby'obulambuzi." }, { "english": "Kisoro is a mountainous area.", "luganda": "Kisoro kitundu kya nsozi." }, { "english": "Uganda is gifted with a lot of natural resources.", "luganda": "Uganda erimu eby'obugagga eby'omuttaka bingi." }, { "english": "The mining industry has contributed to the growth and development of Uganda.", "luganda": "Okuyikuula eby'obugagga eby'omuttaka kye kimu ku biyambye Uganda okukulaakulana." }, { "english": "Natural resources should be well protected by the government.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okukuuma obulungi eby'obugagga eby'omuttaka." }, { "english": "An increase in oil prices discourages the movement of products to the market.", "luganda": "Okweyongera kw'emiwendo gy'amafuta kiremesa eby'amaguzi okutuusibwa mu butale." }, { "english": "Oil prices are stabilizing.", "luganda": "Emiwendo gy'amafuta gigenda gitereera." }, { "english": "The government should provide a favorable investment climate.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okussaawo embeera ennungi esobozesa abantu okuteeka ssente zaabwe mu bizineesi." }, { "english": "Uganda needs more football facilities.", "luganda": "Uganda yeetaaga ebisaawe by'omupiira ebirala." }, { "english": "Security officers should be highly disciplined and highly trained.", "luganda": "Ab'eby'okweringa balina okuba nga bampisa nnungi era nga batendeke bulungi." }, { "english": "Valentine's day is on the fourteenth of February every year.", "luganda": "Olunaku lwa Valentines buli mwaka lubaawo nga kkumi na nya mu mwezi gwa Febwali." }, { "english": "Ministers who are always absent during parliamentary sessions should resign from their positions.", "luganda": "Baminisita abatera okwebulankanya mu ntula za palamenti basaanidde okulekulira ebifo byabwe." }, { "english": "The Uganda People's Defense Forces is represented in the legislature.", "luganda": "Eggye lya Uganda likiikirirwa mu palamenti." }, { "english": "The Minister of Finance prepares and reads the budget for every financial year on behalf of the President.", "luganda": "Minisita w'eby'ensimbi ateekateeka era n'asoma embalirira y'eggwanga eya buli mwaka gw'eby'enfuna era nga kino akikola ku lwa pulezidenti." }, { "english": "The Public Accounts Committee found out that there is misappropriation of funds in the government.", "luganda": "Akakiiko akakola ku kulondoola ssente za gavumenti kaakizuula nti ssente za gavumenti nnyingi zibulankanyizibwa." }, { "english": "Public funds were used to run party operations.", "luganda": "Ssente za gavumenti zaakozesebwa okuddukanya emirimu gy'ekibiina." }, { "english": "Over speeding causes accidents.", "luganda": "Okuvuga endiima kivaako obubenje." }, { "english": "People shouldn't drink and drive.", "luganda": "Abantu tebasaanidde kunywa mwenge ate ne bavuga." }, { "english": "He has scored forty-five goals in total ever since he started playing soccer.", "luganda": "Okuva bwe yatandika okukuba akapiira yaakateeba goolo amakumi ana mu ttaano." }, { "english": "We won the match against their school yesterday.", "luganda": "Twawangudde essomero lyabwe mu kapiira ke twazannye olunaku lwa jjo." }, { "english": "We were disqualified from the competition because my teammate did not wear his uniform.", "luganda": "Twaggibwa mu mpaka kubanga muzannyi munnange yali tayambadde yunifoomu ye." }, { "english": "The players looked so tired at the end of the match.", "luganda": "Abazannyi baalabika ng'abali bakooye ennyo ku nkomerero y'omuzannyo." }, { "english": "If they don't lose this match they are most likely going to win the championship.", "luganda": "Bwe batawangulwa mu muzannyo guno kirabika be bajja okuwangula ekikopo kya bannantameggwa." }, { "english": "He is not allowed to play in the next five matches of the season.", "luganda": "Takkirizibwa kuzannya mipiira ettaano egiddiringaana mu sizoni eno." }, { "english": "I need to sleep because I am so tired.", "luganda": "Nneetaaga okwebaka kubanga nkooye nnyo." }, { "english": "The national team has joined the fight against racism.", "luganda": "Ttiimu y'eggwanga nayo yeegasse ku lutalwo lw'okulwanyisa obusosoze mu mawanga." }, { "english": "They joined the rest of the world to demand justice for the deceased.", "luganda": "Beegase ku bantu bonna mu nsi okusaba wabeewo obwenkanya eri abo abaafa." }, { "english": "The two schools will compete in the netball semifinals tomorrow.", "luganda": "Amasomero abiri gajja kuvuganya mu kuzannya ogw'okupaka oguddirira egy'akamalirizo enkya." }, { "english": "I tried to pass the ball to my teammate but the opponents' defender blocked it.", "luganda": "Nnagezaako okuweereza akapiira eri muzannyi munnange naye omuwuwutanyi ow'oku luddala lw'omulabe n'aguziyizza." }, { "english": "He has scored more goals for his team than the other players.", "luganda": "Ttiimu ye agiteebedde goolo ezisinga obungi okukira abazannyi abalala." }, { "english": "He headed the soccer ball straight into the goalpost.", "luganda": "Omupiira yagukubisa mutwe ne gutuukira ddala ku goolo." }, { "english": "The goalkeeper shocked everyone when he caught the ball.", "luganda": "Omukwasi wa goolo yeewuunyisa buli omu bwe yakwata omupiira ogwo." }, { "english": "The food I ordered has arrived on time.", "luganda": "Emmere gye nnalagiriza etuukidde mu kiseera kituufu." }, { "english": "They scored two more goals in the second half of the match.", "luganda": "Baateebayo goolo endala bbiri mu kitundu eky'okubiri." }, { "english": "The team blamed the coach for their loss and fired him after the game.", "luganda": "Ttiimu yanenya omutendesi nga bamulanga okuba nti ye yabaviirako okuwangulwa era ne bamugoba oluvannyuma lw'omuzannyo." }, { "english": "The coach substituted him because he was injured.", "luganda": "Omutendesi yamusikiza omuzannyi omulala kubanga ye yali afunye obuvune." }, { "english": "She made a lot of money from her second business.", "luganda": "Yakola ssente nnyingi nnyo mu bizineesi ye ey'okubiri." }, { "english": "He scored a goal within the first five minutes of the game.", "luganda": "Goolo yagiteebera mu ddaki ettaano ezisooka." }, { "english": "That team deserved to win the competition because they trained very hard.", "luganda": "Ttiimu eyo ebadde eggwana kuwangula kubanga yatendekebwa nnyo." }, { "english": "He passed the ball to his opponent who scored the winning goal.", "luganda": "Omupiira yaguweereza mulabe we era n'ateeba goolo eyabafunyisa obuwanguzi." }, { "english": "The goal was disqualified because he was standing on the opponents' side.", "luganda": "Goolo yasazibwamu kubanga yali ayimiridde ku ludda lw'omulabe." }, { "english": "Fans will not be allowed in the stadium during the match.", "luganda": "Abawagizi tebajja kukkirizibwa mu kisaawe ng'omupiira guzannyibwa." }, { "english": "The locals celebrated their country's victory in the international dance competitions.", "luganda": "Bannansi bajjaganya olw'ensi yaabwe okuwangula empaka z'amazina ez'nsi yonna." }, { "english": "The school football team has won all the five matches they have played so far.", "luganda": "Ttiimu y'essomero ey'omupiira ewangudde emipiira gyonna ettaano gye baakazannya." }, { "english": "The team has been training hard for tomorrow's game.", "luganda": "Ttiimu ebadde mu kutendekebwa kwa maanyi nnyo nga yeetegekera omuzannyo gw'enkya." }, { "english": "She did not expect to get pregnant at such a young age.", "luganda": "Yali tasuubira kufuna lubuto ng'akyalai muto bw'atyo." }, { "english": "This is the most competitive football match of the season.", "luganda": "Guno gwe mupiira ogukyasinzeeyo okuba ogw'amaanyi mu sizoni eno." }, { "english": "She replied to his letter yesterday.", "luganda": "Ebbaluwa ye yagiddamu olunaku lwa jjo." }, { "english": "The team lost the match today.", "luganda": "Leero ttiimu ewanguddwa." }, { "english": "The stadium was packed to capacity.", "luganda": "Ekisaawe kyajjula ne kibooga." }, { "english": "We hope to win the singing competition tomorrow.", "luganda": "Enkya tusuubira okuwangula empaka z'okuyimba." }, { "english": "The government has allowed sports activities to resume.", "luganda": "Gavumenti ekkiriza eby'emizannyo okuddamu." }, { "english": "Wearing open shoes during the weekdays is against the school rules.", "luganda": "Kimenya amateeka g'esomero okwambala engato ezitabikka kigere kyonna mu nnaku ezitali za wiikendi." }, { "english": "Many people have succumbed to coronavirus.", "luganda": "Abantu bangi bafudde ekirwadde kya korona." }, { "english": "The number of covid-19 patients has reduced.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu abakwatibwa ekirwadde kya covid-19 gukendedde." }, { "english": "The first match of the season will be next Friday.", "luganda": "Omupiira ogunaasooka okuzannyibwa mu sizoni eno gujja kubaawo ku Lwakutaano." }, { "english": "The football players are following the government's instructions to protect themselves against the virus.", "luganda": "Abazannyi b'omupiira bagoberera obulagirizi bwa gavumenti ku bikwata ku kwekuuma ekirwadde kya korona." }, { "english": "The stadium is surrounded by security guards.", "luganda": "Ekisaawe kyetooloddwa ab'eby'okwerinda." }, { "english": "The ushers will ensure that the guests are properly spaced.", "luganda": "Abaaniriza abagenyi bajja kukakasa nti abagenyi beewa amabanga." }, { "english": "That house has a high fence to keep out thieves.", "luganda": "Ennyumba eyo eriko ekikkomera ekiwanvu ekiremesa ababbi." }, { "english": "The coach asked the team to follow the rules of the game.", "luganda": "Omutendesi yakubiriza abazannyi okugoberera amateeka g'omuzannyo." }, { "english": "You can only take this vaccine once in your life.", "luganda": "Basobola okukukuba eddagala lino erigema omulundi gumu gwokka obulamu bwo bwonna." }, { "english": "They threw a big party yesterday.", "luganda": "Baabadde n'embaga ya maanyi olunaku lwa jjo." }, { "english": "The players can be replaced during the match if they get tired.", "luganda": "Abazannyi bwe bakoowa basobola okusikirwa abalala ng'omuzannyo gugenda mu maaso." }, { "english": "The other teams have been training hard to win the matches this season.", "luganda": "Ttiimu ziri endala nazo zibadde zitendekebwa nnyo okusobola okuwangula mu sizoni eno." }, { "english": "She has the highest score on the scoreboard.", "luganda": "Y'akyasinze okuteeba goolo ennyingi." }, { "english": "The rugby team is the second on the scoreboard.", "luganda": "Ttiimu ya rugby ye y'okubiri mu kuteeba." }, { "english": "That football team has a chance to make it to the national finals.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira eyo erina omukisa okutuuka ku gw'akamalirizo." }, { "english": "Very few people showed up to watch the netball game yesterday.", "luganda": "Bantu batono nnyo abazze olunaku lwa jjo okulaba omupiira gw'okubaka." }, { "english": "He has been fired from his job.", "luganda": "Agobeddwa ku mulimu gwe." }, { "english": "She confronted him with evidence that he cheated on her with another woman.", "luganda": "Yamwengaanga era n'amulaga obukakafu nti yayenda ku mukazi omulala." }, { "english": "He wrote a story about his childhood.", "luganda": "Yawandiika ebyafaayo ebikwata ku buto bwe." }, { "english": "Tourists have started visiting the country again.", "luganda": "Abalambuzi bazzeemu okujja mu ggwanga." }, { "english": "That game park has so many animals which I would love to see.", "luganda": "Ekkuumiro ly'ebisolo eryo lirimu ebisolo bingi bye nnandyagadde okulaba." }, { "english": "We have been instructed to sanitize anybody who comes into the office.", "luganda": "Tulagiddwa okubangula buli muntu ajja mu ofiisi eno." }, { "english": "Anybody visiting the zoo is required to wear a mask.", "luganda": "Buli muntu ajja mu kkuumiro ly'ebisolo alina okwambala masiki." }, { "english": "The company has restricted the number of visitors allowed to enter the office.", "luganda": "Kampuni ettaddewo ekkomo ku bagenyi abakkirizibwa okujja mu ofiisi eno." }, { "english": "She cannot have a big wedding because of the pandemic.", "luganda": "Tayinza kukola mbaga nnene olw'ekirwadde kino ekiriwo." }, { "english": "Some people get irritated when they hear a baby crying.", "luganda": "Abantu abamu bayisibwa bubi bwe bawulirwa ng'omwana omuwere akaaba." }, { "english": "We have all been advised to wear masks at all times.", "luganda": "Ffenna tukubirizibwa okwambala masiki ekiseera kyonna." }, { "english": "The president has ordered that there should be only two people in each car.", "luganda": "Pulezidenti alagidde nti buli mmotoka erina kubaamu bantu babiri." }, { "english": "The company donated food to some of its employees who were laid off.", "luganda": "Kampuni yawa emmere abamu ku bakozi baayo abaayimirizibwa ku mirimu." }, { "english": "Gorillas' bodies are covered in fur because they live in cold areas.", "luganda": "Amazike gaba n'ebyoya bingi kubanga gabeera mu bifo bya bunyogovu." }, { "english": "We hope to make more profits than we did last month.", "luganda": "Tusuubira okukola amagoba agasinga ku ge twokola omwezi oguwedde." }, { "english": "We saw an elephant crossing the road in the game park.", "luganda": "Twalaba enjovu mu kkuumiro ly'ebisolo ng'esala ekkubo." }, { "english": "The zoo has been closed because of the total lockdown on the country.", "luganda": "Ekkuumiro ly'ebisolo libadde liggale olw'omuggalo ogubaddewo mu ggwanga lyonna." }, { "english": "The company requests all visitors to wash their hands with water and soap.", "luganda": "Kampuni ekubiriza abagenyi bonna okunaaba engalo nga bakozesa amazzi ne ssabbuuni." }, { "english": "There is mandatory testing for covid-19 at the airport.", "luganda": "Ku kisaawe ky'ennyonyi kya tteeka buli omu okukeberebwa ekirwadde kya covid-19." }, { "english": "People are encouraged to stay at home during the pandemic.", "luganda": "Abantu bakubirizibwa okusigala awaka mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "Uganda has beautiful sites that you can visit for vacation.", "luganda": "Uganda erimu ebifo ebirungi ennyo by'osobola okukyalira ng'oli mu luwummula." }, { "english": "Some people are using the lockdown to tour different parts of the country.", "luganda": "Abantu abamu bakozesa ekiseera ky'omuggalo okulambula ebitundu by'eggwanga ebitali bimu." }, { "english": "Our village is very far from the city center.", "luganda": "Ekyalo kyaffe kiri wala nnyo okuva mu kibuga." }, { "english": "The heavy rain caused the river to flood the entire village.", "luganda": "Enkuba eyafudembye yaviiriddeko amazzi g'ennyanja okwenjaala mu kyalo kyonna." }, { "english": "Some of the houses in my village collapsed during the earthquake.", "luganda": "Agamu ku mayumba mu kyalo kyange gaagudde olwa musisi eyayise." }, { "english": "He was worried that the house might fall on him and his children.", "luganda": "Yabadde mweraliikirivu nnyo nti ennyumba esobola okumugwako n'abaana be." }, { "english": "The wall collapsed because it had too many cracks.", "luganda": "Ekisenge kyagudde kubanga kyabaddeko enjattika nnyingi." }, { "english": "I shifted from that neighborhood because there were too many theft cases.", "luganda": "Eyo nnavaayo kubanga waaliwo obubbi bungi." }, { "english": "That district has been affected by landslides.", "luganda": "Disitulikiti eyo ekoseddwa nnyo olw'okubumbulukuka kw'ettaka." }, { "english": "The village church held prayers throughout the night for their sick pastor.", "luganda": "Ekkanisa ey'omu kyalo yamazeeko ekiro kyonna ng'esabira paasita waayo omulwadde." }, { "english": "It rained so heavily that the roof flew off our house.", "luganda": "Enkuba yatonye nnyo n'akasolya k'ennyumba yaffe ne kavaako." }, { "english": "I was scared when I saw the snake.", "luganda": "Nnatya nnyo bwe nnalaba omusota." }, { "english": "The neighbor's hut had been completely washed away by the flood.", "luganda": "Akasiisira ka muliraanwa konna kaakulukusibwa amataba." }, { "english": "One of the walls cracked and fell as we watched.", "luganda": "Ekimu ku bisenge kyamenyeka ne kigwa nga tulaba." }, { "english": "She has refused to leave her old house.", "luganda": "Agaanye okuva mu nnyumba ye enkadde." }, { "english": "Their house is not strong enough it might collapse if it rains heavily.", "luganda": "Ennyumba yaabwe si ngumu nnyo era eyinza okugwa singa enkuba ey'amaanyi ettonya." }, { "english": "She has no relatives who can give her shelter while she finds a new home.", "luganda": "Talina wa luganda yenna ayinza kumubuddamya nga bw'anoonya aw'okubeera." }, { "english": "The locals requested the government to help them repair the broken bridge.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu baasaba gavumenti ebayambe okudaabiriza olutindo olwamenyeka." }, { "english": "The government has purchased land to accommodate the landslide victims.", "luganda": "Gavumenti eguze ettaka w'ennaateeka abo abaakosebwa okubumbulukuka kw'ettaka." }, { "english": "He wants to leave his current house because it is in bad shape.", "luganda": "Ayagala okuva mu nnyumba mw'abeera kati kubanga ari mu mbeera mbi nnyo." }, { "english": "She lives in a small house with all her children and grandchildren.", "luganda": "Abeera mu kayumba katono n'abaana be ne bazukulu be." }, { "english": "Their house is old and in a poor state.", "luganda": "Ennyumba yaabwe nkadde ate eri mu mbeera mbi." }, { "english": "The roof of our house started leaking when it rained last night.", "luganda": "Akasolya k'ennyumba yaffe kaatandise okutonya enkuba bwe yabadde ettonya ekiro." }, { "english": "He has three wives and twenty children.", "luganda": "Alina abakyala basatu n'abaana amakumi abiri." }, { "english": "My aunt's house is too small to accommodate all my friends.", "luganda": "Ennyumba ya ssenga ntono nnyo teyinza kuggyamu mikwano gyange gyonna." }, { "english": "Most of the locals here cannot afford to feed their families.", "luganda": "Abantu abasinga obungi mu kitundu kino tebasobola kulabirira ba mu maka gaabwe." }, { "english": "The locals who survived the floods were taken to a nearby district for shelter.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu abawonawo amataba baatwalibwa mu disitulikiti ey'okumpi ne baweebwa aw'okubeera." }, { "english": "The mayor asked the government to set up a temporary camp for the landslide victims.", "luganda": "Meeya yasaba gavumenti esseewo ebifo ebitali bya nkalakalira eby'okubeeramu abantu abaakosebwa okubumbulukuka kw'ettaka." }, { "english": "She has no money to shift to a better house.", "luganda": "Talina ssente okusobola okugenda mu nnyumba esingawo obulungi." }, { "english": "That district is in Eastern Uganda.", "luganda": "Disitulikiti eyo eri mu Buvanjuba bwa Uganda." }, { "english": "The pastor asked for support for the widows and orphans he takes care of.", "luganda": "Paasita yasaba ayambibweko ku bannamwandu ne bamulekwa b'alabirira." }, { "english": "The heavy rains have destroyed her crops.", "luganda": "Enkuba efuddemba eyonoonye ebirime bye." }, { "english": "That district has fifteen sub-counties.", "luganda": "Disitulikiti eyo erimu amagombolola kkumi n'attaano." }, { "english": "The walls of our house have started cracking.", "luganda": "Ebisenge by'ennyumba yaffe bitandise okufuna enjattika." }, { "english": "There are big cracks in the walls of the building.", "luganda": "Ennyumba erimu enjattika nnene." }, { "english": "Children are not allowed in the deep end of the swimming pool.", "luganda": "Abaana abato tebakkirizibwa mu kifo awali amazzi amawanvu mu kiddiba ekiwugirwamu." }, { "english": "Some wells in the area have dried up because of the dry spell.", "luganda": "Enzizzi ezimu mu kitundu zikalidde olw'ekyeya." }, { "english": "It is a long distance to walk.", "luganda": "Wala nnyo tetusobola kutambulawo." }, { "english": "The area stinks because a sewage pipe burst this morning.", "luganda": "Ekifo kikyuuma kubanga omuddumu gwa kazambi gwayabise ku makya leero." }, { "english": "Crops thrive in that area because the soil is fertile.", "luganda": "Ebirime bidda bulungi mu kitundu ekyo kubanga ettaka gimu." }, { "english": "His son was crushed to death by a rolling rock last year.", "luganda": "Mutabani we olwazi lweyiringula ne lumukuba n'afa omwaka oguwedde." }, { "english": "There are no trees in that area.", "luganda": "Ekitundu ekyo tekiriimu miti." }, { "english": "The locals cut down the trees to create space for their gardens.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu ekyo baatema emiti gyonna basobole okufuna ennimiro." }, { "english": "Most of the farmers in that area grow beans.", "luganda": "Abalimi abasinga obungi mu kitundu ekyo balima bijjanjalo." }, { "english": "Trees protect the soil from running water which could wash it away.", "luganda": "Emiti giyamba ettaka obutakulukusibwa mazzi." }, { "english": "I have planted a mango tree in my compound.", "luganda": "Nsimbye omuti gw'omuyembe mu lujja lwange." }, { "english": "He is worried about the burglaries happening in the area.", "luganda": "Yeeraliikirira obubbi obw'okumenya amayumba obuli mu kitundu." }, { "english": "He thinks that the rocks are one thousand years old.", "luganda": "Alowooza nti enjazi ezo zimaze emyaka lukumi nga weeziri." }, { "english": "The house is smelling paraffin.", "luganda": "Ennyumba ewunya amafuta g'etaala." }, { "english": "Most of the youth in this area are working in the oil mines.", "luganda": "Abavubuka abasinga obungi mu kitundu kino bakola mu birombe by'amafuta." }, { "english": "He dismissed the likelihood of a volcanic eruption.", "luganda": "Yagambye nti tekisoboka kuba nti olusozi lujja kuwandula omuliro." }, { "english": "Mountains emit Sulphur when they erupt which pollutes the air.", "luganda": "Ensonzi bwe ziwandula omuliro zivaamu evvu n'omukka ogwonoona empewo." }, { "english": "Most mountainous areas cannot be accessed by vehicle.", "luganda": "Ebituntu ebisinga obungi eby'ensonzi tebituukamu mmotokka." }, { "english": "The district has a population of over two hundred thousand.", "luganda": "Disitulikiti erimu abantu abasukka mu mitwalo abiri." }, { "english": "We went on a hike over the weekend.", "luganda": "Ku wiikendi twagenda okulinya ensozi." }, { "english": "The mountain has a beautiful national game park.", "luganda": "Olusozi luliko ekkuumiro ly'ebisolo erirabika obulungi." }, { "english": "That mountain can erupt any day.", "luganda": "Olusozi olwo lusobola okuwandula omuliro olunaku lwonna." }, { "english": "Most of the trees in the area have been cut down for timber.", "luganda": "Emiti egisinga obungi mu kitundu ekyo gyatemebwa okusobola okufunamu embaawo." }, { "english": "If these heavy rains continue the district will face another landslide soon.", "luganda": "Ssinga enkuba yeeyongera okuba ennyingi disitulikiti ejja kubaamu nate okubumbulukuka kw'ettaka." }, { "english": "The district headquarters are located forty kilometers from the city.", "luganda": "Ekitebe ekikulu ekya disitulikiti kyesudde kilomita amakumi ana okuva ku kibuga." }, { "english": "The locals were angry with the district leaders for closing the market.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu baanyigira nnyo abakulembeze ba disitulikiti olw'okuggalawo akatale." }, { "english": "The residents are disappointed that the government has not supported them.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu si basanyufu olw'okuba gavumenti tebayambyeko." }, { "english": "Some of the locals lost their property in the landslide.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu abamu baafiirwa ebintu byabwe mu kubumbulukuka kw'ettaka." }, { "english": "She has not yet submitted her monthly report to the manager.", "luganda": "Tannawaayo alipoota ye eya buli mwezi eri maneja." }, { "english": "He cannot shift his family because they have nowhere else to go.", "luganda": "Tayinza kusengula ba mu maka ge olw'okuba tebalina walala wa kulaga." }, { "english": "She did not want to inconvenience her sister.", "luganda": "Teyayagala kukaluubiriza mwannyina." }, { "english": "The landslide victims are willing to shift to a safer area.", "luganda": "Abantu abaakosebwa okubumbulukuka kw'ettaka beetegefu okusengukira mu kifo ekitaliimu kabi." }, { "english": "My wife demanded that we buy a plot of land to build our own house.", "luganda": "Mukyala wange yampaliriza okugula poloti tuzimbemu ennyumba eyaffe ku bwaffe." }, { "english": "Some of the landslide victims do not want to shift to the resettlement camp.", "luganda": "Abamu ku abo abaakosebwa okubumbulukuka kw'ettaka tebaagala kusengulwa batwalibwe mu bitundu ebirala." }, { "english": "The locals refused to vacate the area because it is their ancestral village.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu baagaana okuva mu kitundu kubanga ekyalo ekyo kya nsikirano." }, { "english": "The prime minister has responded to the locals' pleas for financial support.", "luganda": "Ssabaminisita alina ky'akozeewo olw'abantu okumukaabira bayambibweko mu by'ensimbi." }, { "english": "The government has appointed a committee to observe the situation in that area.", "luganda": "Gavumenti etaddewo akakiiko okwetegereza embeera mu kitundu ekyo." }, { "english": "The first group of landslide victims settled in their new homes today.", "luganda": "Ekibinja ky'abantu ekisoose eky'abo abaakosebwa okubumbukuka kw'ettaka batuuse mu maka gaabwe amapya leero." }, { "english": "She went to live with her parents after her house was destroyed by a fire.", "luganda": "Ennyumba ye bwe yasaanyizibwawo omuliro yagenda okubeera ne bazadde be." }, { "english": "He is the state minister for relief and disaster preparedness.", "luganda": "Ye minisita w'eggwanga avunaanyizibwa ku bigwa bitalaze n'okuyamba abo ababa batuusiddwako akatyabaga." }, { "english": "He advised the government to move the survivors of the landslide to safer regions within the district.", "luganda": "Yawa gavumenti amagezi nti abo abaawonawo mu kubumbulukuka kw'ettaka batwalibwe mu bitundu ebitaliimu mutawaana mu disitulikiti eyo yennyini." }, { "english": "She has refused to help her colleagues with the new project.", "luganda": "Agaanye okuyamba ku banne mu pulojekiti eno empya." }, { "english": "We had to shift to this place because my father got a new job here.", "luganda": "Twalina okusengukira mu kitundu kino kubanga kitange yafuna wano omulimu omupya." }, { "english": "I do not trust the district leaders at all.", "luganda": "Ssesigira ddala bakulembeze ba disitulikiti." }, { "english": "The heavy rains are a sign of climate change in the country.", "luganda": "Enkuba ennyingi kabonero akalaga nti waliwo enkyukakyuka mu mbeera y'obudde mu ggwanga lino." }, { "english": "The district chairperson registered all the victims of the landslide.", "luganda": "Ssentebe wa disitulikiti yawandiika abo bonna abaakosebwa okubumbulukuka kw'ettaka." }, { "english": "The locals claimed that they never received the food that was donated to them.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu baagamba nti tebaafuna mmere eyabaweebwa." }, { "english": "The government has put a lot of effort into reducing the number of covid-19 infections.", "luganda": "Gavumenti ekoze kinene nnyo okulaba nti omuwendo gw'abantu abakwatibwa ekirwadde kya covid-19 gukendera." }, { "english": "The mountain is located on the border of Uganda and Kenya.", "luganda": "Olusozi luli ku nsalo ya Uganda ne Kenya." }, { "english": "The landslides have displaced many people from their homes.", "luganda": "Abantu bangi bavudde mu maka gaabwe olw'okubumbulukuka kw'ettaka." }, { "english": "It is the highest mountain in the country.", "luganda": "Lwe lusozi olusingayo obuwanvu mu ggwanga." }, { "english": "The area is prone to landslides.", "luganda": "Ekitundu ekyo kibaamu nnyo okubumbulukuka kw'ettaka." }, { "english": "There have been over ten landslides in that area over the past ten years.", "luganda": "Ekitundu ekyo kibaddemu okubumbulukuka kw'ettaka emirundu egisukka mu kkumi mu myaka kkumi egiyise." }, { "english": "The bodies of the people who were buried in the landslide were not found.", "luganda": "Emirambo gy'abantu ettaka be lyaziika mu kubumbulukuka kw'ettaka tegyalabika." }, { "english": "Several landslides have occurred in Eastern Uganda.", "luganda": "Mu Buvanjuba bwa Uganda ebaddeyo okubumbulukuka kw'ettaka emirundi egiwerako." }, { "english": "The regions where landslides occurred had high populations which made them high-risk areas for settlement.", "luganda": "Ebitundu omubadde okubumbulukuka kw'ettaka mubaddemu abantu bangi nnyo ne kiba nga kya kabi nnyo abantu okubeera mu kitundu ekyo." }, { "english": "That area is mountainous.", "luganda": "Ekitundu ekyo kya nsozi." }, { "english": "She has to account for the money she was given for shopping.", "luganda": "Alina okulaga engeri gye yakozesaamu ssente ezaamuweebwa okugula ebintu." }, { "english": "The government has released money to support the footballers in international competitions.", "luganda": "Gavumenti ewaddeyo ssente ez'okuyamba abazannyi b'omupiira mu mpaka ez'ensi yonna." }, { "english": "He claims that his wife started the argument.", "luganda": "Agamba nti mukyala we ye yatandika okuyomba." }, { "english": "I have not received any money from him.", "luganda": "Ssifunanga ssente yonna okuva gy'ali." }, { "english": "He gave his wife some money to buy food for the house.", "luganda": "Yawa mukyala we ssente agule emmere ey'okulya awaka." }, { "english": "I paid the last installment of my car loan yesterday.", "luganda": "Ssente ezisembayo ez'ebbanja ly'emmotoka yange nnazisasudde olunaku lwa jjo." }, { "english": "We have not received any donations since the year began.", "luganda": "Tetufunanga buyambi bwonna bukya omwaka guno gutandika." }, { "english": "That company does not have enough money to pay its employees.", "luganda": "Kampuni eyo terina ssente zimala kusasula bakozi baayo." }, { "english": "That money will be used to pay office bills.", "luganda": "Ssente ezo zijja kweyambisibwa okusasula ebikozesebwa mu ofiisi." }, { "english": "The other football teams complained that they don´t receive any support from the government.", "luganda": "Ttiimu ziri endala ez'omupiira zeemmulugunya nti zo tezifuna buyambi bwonna kuva mu gavumenti." }, { "english": "The company used some of the money to pay the salaries of the employees.", "luganda": "Kampuni yakozesa ezimu ku ssente okusasula emisaala gy'abakozi." }, { "english": "The national football team has received ten billion Ugandan shillings from the government.", "luganda": "Ttiimu y'eggwanga ey'omupiira efunye obuwumbi kkumi obwa ssente za Uganda okuva mu gavumenti." }, { "english": "Some of the money my father sent me for tuition was deducted in taxes.", "luganda": "Ezimu ku ssente z'essomero kitange ze yampeereza zaggibwako omusolo." }, { "english": "The government does not have money for constructing new roads.", "luganda": "Gavumenti terina ssente za kuzimba nguudo mpya." }, { "english": "I did not receive the money that the government promised us.", "luganda": "Ssaafuna ssente gavumenti ze yatusuubiza." }, { "english": "The number of covid-19 patients has increased.", "luganda": "Omuwendo gw'abalwadde b'ekirwadde kya covid-19 gulinye." }, { "english": "My sister has tested positive for malaria.", "luganda": "Mwannyinaze bamukebedde ne bamusangumu omusujja." }, { "english": "The children contracted the coronavirus while on a music tour.", "luganda": "Abaana baafuna ekirwadde kya covid-19 bwe baali nga balinako gye balaze okuyimba." }, { "english": "She was discharged from the hospital this morning.", "luganda": "Yasiibuddwa okuva mu ddwaliro ku makya ga leero." }, { "english": "There has been a decrease in the number of infections over the past month.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu abakwatibwa ekirwadde kya covid-19 gwakendeera omwezi oguwedde." }, { "english": "The president encouraged us to wear masks to protect ourselves against the virus.", "luganda": "Pulezidenti yatukubiriza okwambala masiki tusobole okwekuuma obutakwatibwa kirwadde." }, { "english": "Police officers are surrounding the building.", "luganda": "Abapoliisi beebunguludde ekizimbe." }, { "english": "No one is allowed to move after seven o'clock in the evening.", "luganda": "Tewali n'omu akkirizibwa kutambula oluvannyuma lwa ssaawa emu ez'akawungeezi." }, { "english": "The supermarket is very far from where I stay.", "luganda": "Ssemaduuka ali wala nnyo okuva we mbeera." }, { "english": "That company uses motorcycles to deliver food to its customers.", "luganda": "Kampuni eyo ekozesa pikipiki okutwalira bakasitoma baayo ebintu." }, { "english": "Cars are not allowed to move for the next two weeks.", "luganda": "Emmotoka tezijja kukkirizibwa kutambala mu wiiki bbiri eziddako." }, { "english": "The government has pledged to support its less privileged citizens in these hard times.", "luganda": "Gavumenti esuubizza okuyamba ku bantu baayo abateesobola bulungi mu kiseera kino ekizibu." }, { "english": "The vendors are stranded with their goods outside the market.", "luganda": "Abasuubuzi bali awo ebweru w'akatale nga tebamanyi kya kukolera by'amaguzi byabwe." }, { "english": "I closed my boutique after the president's speech on Friday.", "luganda": "Nnaggalawo eduuka lyange oluvannyuma lw'okwogera kwa pulezidenti ku Lwokutaano." }, { "english": "We focus our donations on people who are struggling to feed their families.", "luganda": "Obuyambi tubuwa abantu abakaluubirirwa okuliisa ab'omu maka gaabwe." }, { "english": "Many businesses made losses during the pandemic.", "luganda": "Bizineesi nnyingi tezaakola magoba mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "The government distributed money to support some of its citizens during the lockdown.", "luganda": "Gavumenti yagaba ssente okusobola okuyamba abamu ku bantu baayo mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "Our company contributed fifty million Ugandan shillings towards the construction of the new road.", "luganda": "Kampuni yaffe yawaayo obukadde amakumi attaano eza Uganda okuzimba ekkubo epya." }, { "english": "Nowadays weddings have less than twenty people.", "luganda": "Ennaku zino embaga zibaako abantu abatawera makumi abiri." }, { "english": "You will start experiencing symptoms of coronavirus three days after infection.", "luganda": "Otandika okulaba obubonero bw'ekirwadde kya covid-19 oluvannyuma lw'ennaku ssatu nga kikukute." }, { "english": "The district has bought three new ambulances.", "luganda": "Disitulikii eguzi ambulance ssatu empya." }, { "english": "That committee will work hard to support the locals.", "luganda": "Akakiiko ako kajja kukukola nnyo okuyamba abantu b'omu kitundu." }, { "english": "The new manager has increased our working hours to improve job performance.", "luganda": "Maneja omupya ayongedde ku bungi bw'essaawa ze tukola okusobola okutereeza omulimu." }, { "english": "The president has ordered all district leaders to transport patients to hospitals.", "luganda": "Pulezidenti alagidde abakulembeze ba disitulikiti bonna okuwa abalwadde entabula ebatuusa mu ddwaliro." }, { "english": "He was criticized for arguing with his boss.", "luganda": "Baamuvumirira olw'okuwakana ne mukama we." }, { "english": "Anybody found moving at night will be arrested.", "luganda": "Omuntu yenna annaasangibwa ng'atambula ekiro ajja kukwatibwa." }, { "english": "The coronavirus spreads easily among crowds.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kisaasaana mangu nnyo awali abantu abangi." }, { "english": "Nurses are required to wear masks and gloves when attending to patients.", "luganda": "Abasawo bakubirizibwa okwambala masiki ne gilaavu nga bakola ku balwadde." }, { "english": "She bought oranges and mangoes.", "luganda": "Yagula emiyembe n'emikyungwa." }, { "english": "I went to the market to buy food for the party.", "luganda": "Nnagenda mu katale okugula emmere enneekozesebwa ku mbaga." }, { "english": "The hospital has run out of gloves.", "luganda": "Eddwaliro liweddemu gilaavu." }, { "english": "Some doctors are worried that they may get infected too.", "luganda": "Abasawo abamu beeraliikirivu nti nabo ekirwadde kijja kubakwata." }, { "english": "When you wear a mask and gloves you're protected against the virus.", "luganda": "Bw'oyambala masiki ne gilaavu weekuuma obutakwatibwa kirwadde." }, { "english": "The government spent a lot of money to buy coronavirus test kits.", "luganda": "Gavumenti yakozesa ssente nnyingi nnyo okugula ebikozesebwa mu kukebera ekirwadde kya korona." }, { "english": "The locals are not allowed to move at night.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu tebakkirizibwa kutambula kiro." }, { "english": "During the pandemic no one was allowed to drive their vehicle to other districts.", "luganda": "Mu kiseera ky'ekirwadde tewali n'omu yali akkirizibwa okuvuga emmotoka ye okugenda mu disitulikiti endala." }, { "english": "His car was confiscated by the police because he was driving past curfew time.", "luganda": "Emmotoka ye yatwalibwa aba poliisi kubanga yali avugira mu kiseera kya kafiyu." }, { "english": "Most of the locals are following the president's orders.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu abasinga obungi bagoberera obulagirizi bwa pulezidenti." }, { "english": "She slapped her boss because he was harassing her.", "luganda": "Yakuba mukama we oluyi kubanga yali amukaayukira." }, { "english": "The government vehicles should be used strictly for official work.", "luganda": "Emmotoka za gavumenti zirina kukozesebwa ku mirimu gya gavumenti gyokka." }, { "english": "The district commissioner is teaching the locals how to protect themselves from the virus.", "luganda": "Omukungu akulira disitulikiti ayigiriza abantu b'omu kitundu engeri y'okwekuumamu ekirwadde." }, { "english": "He is the district chairperson.", "luganda": "Ye ssentebe wa disitulikiti." }, { "english": "My brother was arrested yesterday.", "luganda": "Muganda wange yakwatiddwa olunaku lwa jjo." }, { "english": "The witness narrated the accident to the police.", "luganda": "Abo abaaliwo baategeeza poliisi ekyaviirako akabenje." }, { "english": "He is accused of disobeying the president's instructions.", "luganda": "Avunaanibwa gwa kujeemera biragiro bya pulezidenti." }, { "english": "He missed the district committee meeting this morning.", "luganda": "Ku makya ga leero teyabaddewo ku lukungaana lw'akakiiko ka disitulikiti." }, { "english": "He was using the government vehicle for personal jobs.", "luganda": "Yali akozesa mmotoka ya gavumenti ku mirimu egigye ku bubwe." }, { "english": "We scored two goals against the visiting team.", "luganda": "Ttiimu eyatukyalira twagikuba goolo bbiri." }, { "english": "Sports activities resumed but only players are allowed in the stadiums.", "luganda": "Eby'emizannyo byaddamu naye abazannyi bokka be bakkirizibwa mu kisaawe." }, { "english": "All soccer matches have been postponed for three months.", "luganda": "Empaka z'emipiira zonna zoongeddwayo emyezi essatu mu maaso." }, { "english": "He will come back to the office next week.", "luganda": "Ajja kudda mu ofiisi wiiki ejja." }, { "english": "He scored his third goal of the match.", "luganda": "Yateeba goolo ye ey'okusatu." }, { "english": "That team has over thirty players.", "luganda": "Ttiimu erina abazannyi abasukka mu makumi asatu." }, { "english": "We shall train hard for the next two weeks to win the national finals.", "luganda": "Tujja kutendekebwa nnyo mu wiiki bbiri ezijja tusobole okuwangula egy'akamalirizo." }, { "english": "Both teams substituted players three times during the match.", "luganda": "Ttiimu zombi zaakyusa abazannyi emirundi essatu mu muzannyo ogwo." }, { "english": "He stood behind me in the line.", "luganda": "Yayimirira mabega wange ku layini." }, { "english": "If we don't win this game we shall have to play in the losers' match.", "luganda": "Bwe tutawangula muzannyo guno tujja kuzannya ogwo ogw'abataasobola kuyitawo." }, { "english": "The match will start tomorrow in the afternoon.", "luganda": "Omuzannyo gujja kutandika enkya olweggulo." }, { "english": "The team was founded over one hundred years ago.", "luganda": "Ttiimu eno yatandikibwawo emyaka egisukka mu kikkumi egiyise." }, { "english": "I watched the match on television at a nearby bar.", "luganda": "Omuzannyo nnagulabira ku ttivi mu bbaala eri okumpi awo." }, { "english": "He retired from playing football two years ago.", "luganda": "Yawummula ogw'okuzannya omupiira emyaka ebiri egiyise." }, { "english": "There are no supporters in the stadium.", "luganda": "Mu kisaawe temuli bawagizi." }, { "english": "Watching the match from your home gives you the freedom to do anything.", "luganda": "Omuzannyo bw'ogulabira ewuwo kikusobozesa okubaako n'ebirala by'okola." }, { "english": "The spectators cheered in support of his goal.", "luganda": "Abalabi b'omupiira baalekaana nga balaga obuwagizi bwabwe olwa goola gye yali ateebye." }, { "english": "Each of the players was tested for coronavirus before entering the stadium.", "luganda": "Buli omu ku bazannyi yakeberebwa ekirwadde kya korona nga tannayingira kisaawe." }, { "english": "The police fired bullets in the air to disperse the crowds.", "luganda": "Polliisi yakuba amasasi mu bbanga okusobola okugumbulula ekibiina ky'abantu." }, { "english": "It is a professional football club.", "luganda": "Ttiimu ya bazannyi ba bbaluwa." }, { "english": "The fans are watching the football match from their homes.", "luganda": "Abawagizi omupiira bagulabira mu maka gaabwe." }, { "english": "We held prayers in honor of those who died last year.", "luganda": "Twabadde n'okusaba ku lw'abo abaafa omwaka oguwedde." }, { "english": "We all clapped for the best player in the match.", "luganda": "Ffenna twakubira mu ngalo oyo eyasinga okuzannya obulungi." }, { "english": "The supporters were cheering loudly in celebration of their team's goals.", "luganda": "Abawagizi baali baleekaanira waggulu nga bajaganya olwa goolo ttiimu yaabwe gye yali eteebye." }, { "english": "Our team won the national soccer finals.", "luganda": "Ttiimu yaffe yawangula egy'eggwanga egy'akamalirizo." }, { "english": "Some parents are mistreating their children.", "luganda": "Abazadde abamu bayisa bubi abaana baabwe." }, { "english": "Our mission is to support orphans in the community to complete their education.", "luganda": "Ekiruubiriwa kyaffe kya kuyamba bamulekwa abali mu kitundu okumaliriza emisomo gyabwe." }, { "english": "The company has branches in forty-eight districts across the country.", "luganda": "Kampuni erina amatabi mu disitulikiti amakumi ana mu munaana okwetooloola eggwanga lyonna." }, { "english": "That organization is helping poor people with money to support their families.", "luganda": "Ekibiina kiyamba abaavu nga kibawa ssente ez'okulabirira ab'omu maka gaabwe." }, { "english": "Some children dropped out of school because of the pandemic.", "luganda": "Abaana abamu eby'okusoma baabivaako olw'ekirwadde." }, { "english": "The company has released money for the purchase of medicine.", "luganda": "Kampuni ewaddewo ssente ez'okugula eddagala." }, { "english": "That organization donated desks to the village school.", "luganda": "Ekibiina ekyo kyawa essomero ly'omu kyalo entebe." }, { "english": "He took photographs of the ceremony.", "luganda": "Yakuba ebifaananyi ku mbaga eyo." }, { "english": "I donated exercise books to some children in my village.", "luganda": "Abaana abamu ab'omu kyalo kyange nnabawa ebitabo." }, { "english": "Some people lost their jobs and cannot provide for their families.", "luganda": "Abantu abamu baafiirwa emirimu gyabwe era tebasobola kulabirira ba mu maka gaabwe." }, { "english": "The students in villages are not learning because their parents cannot afford computers.", "luganda": "Abayizi ab'omu byalo tebasobola kusoma kubanga bazadde baabwe tebalina busobozi bwa kugula kompyuta." }, { "english": "The government will find a solution for the children who stopped learning.", "luganda": "Gavumenti ejja kusalira amagezi abaana abaalekera awo okusoma." }, { "english": "The foundation has been supporting the elderly in the community.", "luganda": "Ekibiina ekyo kibadde kiyamba bannamukadde abali mu kitundu." }, { "english": "The project will cover four districts in the country.", "luganda": "Pulojekiti eno ejja kuba mu disitulikiti nnya mu ggwanga." }, { "english": "Some men beat their wives at home.", "luganda": "Abasajja abamu bakuba bakyala baabwe awaka." }, { "english": "She asked the locals to work with the police to catch the criminals.", "luganda": "Yasaba abantu b'omu kitundu okukolera awamu ne poliisi okukwata abamenyi b'amateeka." }, { "english": "Some people die because they don't receive blood in time.", "luganda": "Abantu abamu bafa olw'obutateekebwamu mangu musaayi." }, { "english": "The hospital does not have blood for transfusions.", "luganda": "Eddwaliro telirina musaayi gwa kuteeka mu abo abagwetaaga." }, { "english": "Few people donate blood nowadays.", "luganda": "Bantu batono nnyo ennaku zino abagaba omusaayi." }, { "english": "The hospital has organized a blood donation campaign tomorrow.", "luganda": "Eddwaliro litaddewo enteekateeka enneesobozesa abantu okugaba omusaayi enkya." }, { "english": "Some people do not know that donating blood saves the lives of many people.", "luganda": "Abantu abamu tebakimanyi nti okugaba omusaayi kiwonyawo obulamu bw'abantu bangi." }, { "english": "That organization is responsible for keeping the blood we donate safely.", "luganda": "Ekibiina kino kirina obuvunaanyizibwa okukakasa nti omusaayi gwe tuwaayo guterekebwa bulungi." }, { "english": "Some patients die from blood loss because hospitals have no blood.", "luganda": "Abalwadde abamu bafa olw'okuggwaamu omusaayi kubanga mu malwaliro temuli musaayi." }, { "english": "He urged the locals to donate blood.", "luganda": "Yakubiriza abantu mu kitundu okugaba omusaayi." }, { "english": "She is a pediatrician.", "luganda": "Ye musawo w'abaana." }, { "english": "Some of the locals have no means of reaching the hospital.", "luganda": "Abantu abamu mu kitundu tebalina busobozi bwa kutuuka mu ddwaliro." }, { "english": "Anemia can lead to death in pregnant women.", "luganda": "Abakyala abali embuto basobola okufa bwe bagwaamu omusaayi." }, { "english": "We drove to the hospital yesterday.", "luganda": "Olunaku lwa jjo twavuga ne tugenda mu ddwaliro." }, { "english": "There is no blood in the blood bank.", "luganda": "Mu tterkero ly'omusaayi teriiyo musaayi." }, { "english": "The blood donation campaign had very few supporters.", "luganda": "Bantu batono nnyo abaawagira enteekateeka y'okugaba omusaayi." }, { "english": "The youth are encouraged to donate blood because they're strong.", "luganda": "Abavubuka bakubirizibwa okugaba omusaayi kubanga bo bakyalina amaanyi." }, { "english": "The Chinese have built several roads in our country.", "luganda": "Abakyayina bakoze amakubo mangi mu ggwanga lyaffe." }, { "english": "Good roads ease the transportation of goods to the market.", "luganda": "Amakubo amalungi gasobozesa eby'amaguzi okutuuka mu butale." }, { "english": "The government has built a new road in my district.", "luganda": "Gavumenti ezimbye ekkubo epya mu disitulikiti yange." }, { "english": "The Chinese government renovated the president's house for free.", "luganda": "Gavumenti ya China yadaabiriza ennyumba ya pulezidenti ku bwereere." }, { "english": "Computers make work easier and save time.", "luganda": "Kompyuta zaanguya omulimu." }, { "english": "Some Americans claim that the virus was made by the Chinese government.", "luganda": "Abantu abamu mu Amerika bagamba nti ekirwadde kya korona gavumenti ya China ye yakikola." }, { "english": "The Chinese government has supported the economic growth of many African countries.", "luganda": "Gavumenti ya China eyambye ensi za Afirika nnyingi okukulaakulana mu by'enfuna." }, { "english": "The government has contracted a Chinese company to construct that road.", "luganda": "Gavumenti ewadde kampuni y'Abakyayina omulimu gw'okuzimba ekkubo eryo." }, { "english": "The rumor that China intentionally manufactured the coronavirus is false.", "luganda": "Ebyogerwa nti Abakyayina baakigenderera okukola akawuka akaleeta ekirwadde kya korona si bituufu." }, { "english": "The economic war between America and China has extended to Africa.", "luganda": "Olutalo lw'eby'enfuna oluli wakati wa Amerika ne China lutuuse ne mu Afirika." }, { "english": "She was accused of stealing money from the company.", "luganda": "Yalumirizibwa nti yabba ssente za kampuni." }, { "english": "The project couldn't be sustained because of the lack of funds.", "luganda": "Pulojekiti yali tesobola kuyimirizibwawo lwa kubulwa ssente." }, { "english": "My brother followed me to the party to observe what I was doing.", "luganda": "Muganda wange yangoberera ku mbaga alabe kye nnali nkolayo." }, { "english": "There are American soldiers in some countries in Africa.", "luganda": "Amaggye ga Amerika gali mu nsi ezimu ez'omu Afirika." }, { "english": "For over sixty years Uganda was being governed by the British government.", "luganda": "Okumala emyaka egisukka mu nkaaga Uganda yali efugibwa gavumenti ya Bungereza." }, { "english": "The government of America spies on some countries to protect the oppressed citizens.", "luganda": "Gavumenti ya Amerika eketta ensi ezimu okusobola okukuuma abantu mu nsi ezo abayisibwa obubi." }, { "english": "Some rebels wanted to overthrow the government.", "luganda": "Abayeekera abamu baali baagala kummamulako gavumenti." }, { "english": "The wars in some African countries are because of dictatorships.", "luganda": "Ensi za Afirika ezimu zirimu entalo olw'obwannakyemalira." }, { "english": "Some European and Asian countries set tough conditions for donations to African countries.", "luganda": "Ensi ezimu ez'e Bulaaya ne Asiya ziteekawo obukwakkulizo bwa maanyi obukwata ku kuwa ensi za Afirika obuyambi." }, { "english": "Businesses are required to operate after obtaining a trading license.", "luganda": "Bizineesi zikkirizibwa okukola oluvannyuma lw'okufuna layisensi." }, { "english": "Investors are given free land to establish industries and factories.", "luganda": "Abasigansimbi baweebwa ettaka lya bwereere basobole okuzimba amakolero." }, { "english": "Some politicians represent personal interests.", "luganda": "Bannabyabufuzi abamu bakiikirira byabwe ku bwabwe." }, { "english": "Security was tightened in Kasese district.", "luganda": "Eby'okwerinda byanywezebwa mu disitulikiti y'e Kasese." }, { "english": "Ambassadors represent the country's interests.", "luganda": "Ababaka mu nsi endala bakiikirira ensi mwe bava." }, { "english": "The government may have agents in the opposition parties.", "luganda": "Gavumenti eyinza okuba n'abagikolera nga bali mu bibiina ebivuganya gavumenti." }, { "english": "Opposition members lack funds to finance party activities.", "luganda": "Abo abali ku ludda oluvuganya gavumenti tebalina ssente za kuddukanya mirimu gya kibiina." }, { "english": "Opposition leaders should be united.", "luganda": "Abakulembeze ku ludda oluvuganya gavumenti balina kuba bumu." }, { "english": "Telecom companies have simplified communication across the country.", "luganda": "Kampuni z'amasimu zigonzezza nnyo eby'empuliziganya mu ggwanga." }, { "english": "Uganda telecom was privatized by the government.", "luganda": "Ekitongole kya Uganda eky'amasimu gavumenti yakitunda." }, { "english": "The telecom company needs to consistently advertise and market its products.", "luganda": "Kampuni y'amasimu erina okulangirira buli kiseera eby'amaguzi byaayo." }, { "english": "The media is insightful.", "luganda": "Emikuttu gy'eby'empuliziganya gikunga." }, { "english": "Kampala Capital City Authority football club is the best club in Uganda this season.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira eya KCCA y'esinze okukola obulungi mu sizoni eno." }, { "english": "The football team won the premier league and the Uganda cup.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira yawangula egya pulimya liigi n'egy'ekikopo kya Uganda." }, { "english": "Some opposition members were elected to represent Uganda in the East African Legislative Assembly.", "luganda": "Abamu ku ludda oluvuganya gavumenti baalondebwa okukkirira Uganda mu lukiiko olukulu olwa East Africa." }, { "english": "Every country in East Africa sends members to the East African Legislative Assembly.", "luganda": "Buli nsi eri mu East Africa eweereza ababaka mu Lukiiko olukulu olwa East Africa." }, { "english": "All commercial banks are regulated by the Bank of Uganda.", "luganda": "Bbanka zonna mu Uganda zirabirirwa bbanka enkulu eya Uganda." }, { "english": "That bank ran bankrupt and its shares were sold off.", "luganda": "Bbanka eyo yayavuwala era emigabo gyaayo ne gitundibwa." }, { "english": "Schools in Wakiso and Kampala performed better than those in other districts.", "luganda": "Amasomero g'omu Wakiso ne Kampala gaakola bulungi okusinga ag'omu disitulikiti endala." }, { "english": "Schools in rural areas performed poorly.", "luganda": "Amasomero g'omu byalo gaakola bubi." }, { "english": "The youth livelihood program aims at creating employment for the people.", "luganda": "Pulogulaamu ey'okutumbula embeera z'abavubuka erina kiriruubirirwa kya kutonderawo bantu mirimu." }, { "english": "Youths will improve their standards of living through the youth livelihood program.", "luganda": "Embeera y'abavubuka ejja kulongooka okuyitira mu mu pulogulaamu ettumbula embeera z'abavubuka." }, { "english": "The government intends to provide funds to youths so that they engage in business.", "luganda": "Gavumenti erina ekiruubirirwa eky'okuwa abavubuka ssente basobole okukola bisineesi." }, { "english": "Those funds should be followed up so that they are used to achieve the intended objectives.", "luganda": "Ssente ezo zirina okulondolwa zisobole okutuukiriza ekigendererwa kyaazo." }, { "english": "A court is a place for serving justice.", "luganda": "Kkooti kifo ekirina okuwa abantu obwenkanya." }, { "english": "Uganda has many security agencies.", "luganda": "Uganda erina ebitongole bingi eby'eby'okweringa." }, { "english": "The court was rescheduled until ninth June.", "luganda": "Kkooti yayongezebwayo okutuusa nga nga mwenda Jjuuni." }, { "english": "The private sector contributes the biggest percentage to the Ugandan economy.", "luganda": "Banneekoleragyange bakola ekitundu ekisinga obunnene mu by'enfuna bya Uganda." }, { "english": "People will be equipped with skills to speed up the production process.", "luganda": "Abantu bajja kubangulwa basobole okukola ebintu mu bwangu." }, { "english": "World Bank has funded various projects in Uganda.", "luganda": "Bbanka y'ensi yonna ettadde sente mu pulojekiti ezitali zimu mu Uganda." }, { "english": "The ruling political party fought for peace in Uganda.", "luganda": "Ekibiina ky'eby'obufuzi ekiri mu buyinza kyalwanirira mirembe mu Uganda." }, { "english": "The army had the objective of capturing power.", "luganda": "Amaggye gaalina kiruubirirwa kya kujja mu buyinza." }, { "english": "Other people funded the war.", "luganda": "Waliwo abantu abalala abaateeka ssente mu lutalo olwo." }, { "english": "Many people have benefitted from the National Resistance government.", "luganda": "Abantu bangi baganyuddwa mu gavumenti ya NRM." }, { "english": "Many people lost their lives during the war.", "luganda": "Abantu bangi baafiirwa obulamu bwabwe mu kiseera ky'olutalo." }, { "english": "They do not know what they are supposed to do.", "luganda": "Tebamanyi kye basaanidde kukola." }, { "english": "Farmers lack pesticides and insecticides to control diseases.", "luganda": "Abalimi tebalina ddagala lya kufuuyira biwaka mu birime byabwe." }, { "english": "Farmers recorded low yields in the last planting season.", "luganda": "Abalimi baafuna amakungula matono nnyo mu sizoni ewedde." }, { "english": "Farmers should use effective and efficient agricultural measures to control the spread of pests and diseases.", "luganda": "Abalimi basaanidde okugoberera enkola ennungi okusobola okutangira okusaasaana kw'ebiwuka." }, { "english": "Some farmers have been discouraged by the low maize prices on the market.", "luganda": "Abalimi abamu baweddemu amaanyi olw'emiwendo gya kasooli egiri wansi." }, { "english": "The government purchased disease-resistant seeds for the farmers.", "luganda": "Gavumenti yagulira abalimi ensigo eziggumira ebirwadde ebirumba ebirime." }, { "english": "People don't have what to eat.", "luganda": "Abantu tebalina kya kulya." }, { "english": "Boxing clubs have sent representatives to the boxing championships at Lugogo.", "luganda": "Ebibiina by'abakubi b'ebikonde biweereza abantu okubakiikirira mu mpaka za bannantameggwa e Lugogo." }, { "english": "Referees have been accused of being inexperienced.", "luganda": "Badifiiri bavunaanibwa lwa butaba na bumanyirivu." }, { "english": "Ugandan ambassadors should uphold the dignity of the country.", "luganda": "Ababaka ba Uganda mu nsi endala basaanidde okutumbula ekitiibwa ky'eggwanga." }, { "english": "Security agencies should respect the constitution.", "luganda": "Ebitongole by'eby'okwerinda bisaanidde okussa ekitiibwa mu ssemateeka." }, { "english": "The three arms of government depend on each other.", "luganda": "Amatabi asatu agakola gavumenti gasaanidde okukolagana." }, { "english": "Uganda Revenue Authority is under the Ministry of Finance.", "luganda": "Ekitongole ekivunaanyizibwa ku misolo mu Uganda kiri wansi wa minisitule y'eby'ensimbi." }, { "english": "Some businesses avoid paying taxes.", "luganda": "Bizineesi ezimu zeewala okuwa emisolo." }, { "english": "Uganda should send experts in international relations to the East African Legislative Assembly.", "luganda": "Ababaka Uganda b'eweereza mu lukiiko olukulu olwa East Afirica balina kuba nga balina obukugu mu nkolagana n'ensi endala." }, { "english": "People should always be given a chance to serve the country.", "luganda": "Abantu balina okuweebwanga akakisa okuweereza eggwanga." }, { "english": "The regional assembly solves issues affecting the member states.", "luganda": "Olukiiko olugatta amawanga lukola ku nsonga ezikwata ku mawanga agakola olukiiko olwo." }, { "english": "Politicians and public servants should make proper decisions for the people.", "luganda": "Bannabyabufuzi n'abakozi ba gavumenti basaanidde okukola okusalawo okuganyula abantu." }, { "english": "Politicians are elected by the people.", "luganda": "Bannabyabufuzi balondebwa bantu." }, { "english": "Police should be well facilitated to effectively carry out proper investigations.", "luganda": "Poliisi erina okuweebwa obuyambi okusobola okukola okunoonyereza okulungi." }, { "english": "Cultural leaders should be given proper security.", "luganda": "Abakulembeze ab'ensikirano balina okuweebwa obukuumi obusaanidde." }, { "english": "All criminals should be charged in the courts of law.", "luganda": "Abamenyi b'amateeka bonna balina okutwalibwa mu kkooti z'amateeka." }, { "english": "Parents pay huge amounts of money to take their children back to school.", "luganda": "Abazadde basasula buttittimbe bw'ensimbi okusobola okuzaayo abaana baabwe mu masomero." }, { "english": "Private schools charge high amounts of school fees.", "luganda": "Amasomero g'obwannanyini gasaba ssente nnyingi ez'ebisale by'essomero." }, { "english": "The government increased taxes on some products.", "luganda": "Gavumenti yayongeza emisolo ku bintu ebimu." }, { "english": "Some parents take children to schools that provide scholarships and bursaries.", "luganda": "Abazadde abamu batwala abaana baabwe mu masomero agagaba sikaala ne bbasale." }, { "english": "Parents want to take their children to the best schools.", "luganda": "Abazadde baagala okutwala abaana baabwe mu masomero agasinga obulungi." }, { "english": "Some secondary schools are only concerned about making money.", "luganda": "Amasomero agamu aga siniya go gafaayo ku kukola bukozi ssente." }, { "english": "Legislators need to know the constitution.", "luganda": "Bamemba ba palamenti balina okuba nga bategeera ssemateeka ky'agamba." }, { "english": "Government policies have empowered people in the justice law and order sector.", "luganda": "Enkola ya gavumenti ewadde obuyinza abantu abali mu kitongole ekiramuzi n'abakola amateeka." }, { "english": "The Speaker presides over the legislature.", "luganda": "Sipiika y'akubiriza olukiiko lwa palamenti." }, { "english": "Uganda is engaged in multi-party politics.", "luganda": "Uganda egoberera enkola ey'ebibiina by'obufuzi ebingi." }, { "english": "Politicians need to look out for political support.", "luganda": "Bannabyabufuzi balina okunoonya obuwagizi." }, { "english": "Party members are required to follow the party rules and procedures.", "luganda": "Abawagizi b'ekibiina balina okugoberera amateeka n'enkola y'ekibiina." }, { "english": "Farmers in Lwengo district lack enough market for their agricultural produce.", "luganda": "Abalimi mu disitulikiti y'e Lwengo tebalina butale bumala obw'ebirime byabwe." }, { "english": "Farmers sold some of their products at lower prices because of the low demand.", "luganda": "Abalimi baatunda ebimu ku birime byabwe ku bbeeyi eya wansi olw'okuba batono abaali babyetaaga." }, { "english": "People should have respect for each other in society.", "luganda": "Mu kitundu abantu balina okussingaanamu ekitiibwa." }, { "english": "Some people believe in witchcraft.", "luganda": "Abantu abamu bakkiririza mu ddogo." }, { "english": "Hundreds of wild birds were found dead on the shores of Lake Victoria.", "luganda": "Enkumi n'enkumi z'ebinnyonyi byasangibwa nga bifiiridde ku lubalama lw'ennyanja Victoria." }, { "english": "The agricultural sector should be given more funds in the next financial year.", "luganda": "Eby'obulimi birina okuteekebwamu ssente nnyingi mu mwaka gw'eby'enfuna ogujja." }, { "english": "Uganda should export good quality agricultural produce.", "luganda": "Uganda erina okutunda wabweru w'eggwanga ebirime ebiri ku mutindo omulungi." }, { "english": "People always struggle to achieve their dreams.", "luganda": "Abantu batera okufuba ennyo okusobola okutuukiriza ekiruubirirwa kyabwe." }, { "english": "People turn to God when they are facing problems.", "luganda": "Abantu badda eri Katonda bwe boolekagana n'ebizibu." }, { "english": "Footballers in the third division are not well facilitated.", "luganda": "Abazannyi b'omupiira abali ku mutendera ogw'okusatu tebayambibwako kimala." }, { "english": "African Union elects a new chairperson every year.", "luganda": "Olukiiko lwa Afirica lulonda ssentebe waalwo buli mwaka." }, { "english": "He won the elections because of his popularity in that district.", "luganda": "Yawangula akalulu kubanga amanyiddwa nnyo mu disitulikiti eyo." }, { "english": "Kenya has a stable economy.", "luganda": "Eby'enfuna by'e Kenya birungi." }, { "english": "Children learn so many things when they socialize with each other.", "luganda": "Abaana bayiga ebintu bingi nnyo bwe babeera awamu ne bannaabwe." }, { "english": "Children are given small roles and responsibilities as they grow up.", "luganda": "Abaana baweebwa obulimu obutonotono n'obunaanyizibwa nga bagenda bakula." }, { "english": "Educational toys teach children about sharing.", "luganda": "Eby'okuzannyisa by'abaana ebiyigiriza biyamba abaana okugabana ebintu byabwe n'abalala." }, { "english": "Elders should provide for their children.", "luganda": "Abantu abakulu basaanidde okulabirira abaana baabwe." }, { "english": "Children make friends through socializing.", "luganda": "Abaana bakola emikwano bwe babeera n'abalala." }, { "english": "Many people cannot access legal services because of limited finances.", "luganda": "Abantu bangi tebasobola kuyambibwa mu mateeka olw'okuba baba tebalina ssente." }, { "english": "Our company has established different branches across the country.", "luganda": "Kampuni yaffe etandiseewo amattabi agatali gamu okwetooloola eggwanga lyonna." }, { "english": "Women lack enough capital to engage in business activities.", "luganda": "Abakazi tebaba na ssente zimala okwetandikirawo bizineesi." }, { "english": "Some women are the breadwinners in their homes.", "luganda": "Abakazi abamu be bakola ssente eziyimirizaawo ab'omu maka gaabwe." }, { "english": "Most people in Uganda have small business enterprises.", "luganda": "Abantu abasinga obungi mu Uganda bizineesi zaabwe ntonotono." }, { "english": "The country has won very many gold medals from the continental boxing championship.", "luganda": "Eggwanga liwangudde emidaali mingi egya zaabu mu mpaka z'ebikonde eza bannantameggwa ezibadde mu ssemazinga waffe." }, { "english": "The government should extend free medical services to people in rural areas.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okutuusa ku bantu ab'omu byalo eby'obujjanjabi obutali bwa kusasulira." }, { "english": "Uganda lacks sports facilities.", "luganda": "Uganda terina bintu ebyeyambisibwa mu mizannyo." }, { "english": "Sports federations should have a clear organizational structure.", "luganda": "Ebibiina by'emizannyo birina okuba n'enteekateeka ennambulukufu." }, { "english": "People should be informed about the dangers of tobacco.", "luganda": "Abantu balina okutegeezebwa ku kabi akali mu kunywa taaba." }, { "english": "The sale of single cigarettes is prohibited in Uganda.", "luganda": "Tekkirizibwa mu Uganda ssigala okumutundira mu minnwe." }, { "english": "The president has the power to appoint the vice president.", "luganda": "Pulezidenti alina obuyinza okulonda omummyuka we." }, { "english": "Some politicians from the opposition are only concerned about their welfare.", "luganda": "Bannabyabufuzi abamu abali ku ludda oluvuganya bafaayo ku byabwe byokka." }, { "english": "You are the next speaker.", "luganda": "Ggwe sipiika addako." }, { "english": "You have a nice handwriting.", "luganda": "Owandiika bulungi." }, { "english": "In Africa elders are greeted by the young members of the community.", "luganda": "Mu Afirica abato be babuuza abakulu mu kitundu." }, { "english": "I want to charge my phone.", "luganda": "Essimu yange njagala kugissa ku muliro." }, { "english": "What plans do you have for your son's education?", "luganda": "Nteekateeka ki z'olina ku by'okusoma kwa mutabani wo?" }, { "english": "I am a member of the writers' club at my school.", "luganda": "Ndi mmemba mu kibiina ky'abawandiisi ku ssomero lyange." }, { "english": "Do you have a role model?", "luganda": "Olina omuntu gw'olabirako?" }, { "english": "You have a nice photo album.", "luganda": "Olina alubbamu y'ebifaananyi ennungi." }, { "english": "Thank you for turning up for this meeting.", "luganda": "Mwebale kujja mu lukungaana luno." }, { "english": "Always be hopeful in your life.", "luganda": "Beeranga n'esuubi mu bulamu bwo." }, { "english": "Our road trip was the best!", "luganda": "Olugendo lwaffe lwe lwasingayo okuba olulungi." }, { "english": "Her daughter is the director of our organization.", "luganda": "Muwala we ye dayirekita w'ekibiina kyaffe." }, { "english": "The school needs a nurse.", "luganda": "Essomero lirina obwetaavu bw'omusawo." }, { "english": "Who has switched off the lights?", "luganda": "Ani aggyeko amataala?" }, { "english": "I am going to watch the waves on the lake.", "luganda": "Ngenda kulaba mayengo ku nnyanja." }, { "english": "Which group made that advert?", "luganda": "Baani abaakola ekirango ekyo?" }, { "english": "I saw an elephant yesterday.", "luganda": "Olunaku lwa jjo nnalaba enjovu." }, { "english": "You won't understand the reason why they fought.", "luganda": "Tojja kutegeera nsonga lwaki baalwana." }, { "english": "The school uniform does not match at all.", "luganda": "Yunifoomu y'essomero tefaanagana n'akamu." }, { "english": "You have said a lot of words.", "luganda": "Oyogedde ebigambo bingi nnyo." }, { "english": "Why were you crying?", "luganda": "Wabadde okaabira ki?" }, { "english": "I found him melting the metal at the factory.", "luganda": "Nnamusanga asaanuusa byuma mu kkolero." }, { "english": "Did you put anything in this box?", "luganda": "Olina ekituntu kyonna kye watadde mu bbookisi eno?" }, { "english": "The whole class went silent when I entered.", "luganda": "Ekibiina kyonna kyasirika bwe nnayingira." }, { "english": "I have a lot of things to do.", "luganda": "Nnina bingi eby'okukola." }, { "english": "I don’t know how to drive.", "luganda": "Simanyi kuvuga." }, { "english": "He knows how to speak English.", "luganda": "Amanyi okwogera Olungereza." }, { "english": "Have you been to any hills in Uganda?", "luganda": "Wali ogenzeeko ku lusozi lwonna wano mu Uganda?" }, { "english": "Come along with that dictionary.", "luganda": "Jjangu n'enkuluze eyo." }, { "english": "What is wrong with your eye?", "luganda": "Eriiiso lyo libadde ki?" }, { "english": "Tell your teacher the truth.", "luganda": "Omusomesa wo mubuulire ekituufu." }, { "english": "I want to buy a faster car.", "luganda": "Njagala kugula emmotoka edduka emisinde." }, { "english": "What do you know about that girl?", "luganda": "Omuwala oyo omumanyiiko ki?" }, { "english": "I like what I see.", "luganda": "Bye ndaba mbyagaala." }, { "english": "Did I promise to give you anything?", "luganda": "Nnina kye nnakusuubiza okukuwa?" }, { "english": "I sat on my mother's laps throughout the whole journey.", "luganda": "Nnatuula ku bisambi bya maama wange okumalako olugendo lwonna." }, { "english": "Why didn’t you call me yesterday?", "luganda": "Lwaki jjo tewampita?" }, { "english": "I want some lemons.", "luganda": "Njagala ku nniimu." }, { "english": "Your skirt is dirty.", "luganda": "Sikaati yo nkyaafu." }, { "english": "The waitress is complaining about your behavior.", "luganda": "Omuwala aweereza mu wooteeri yeemmulugunya ku nneeyisa yo." }, { "english": "Who bought that dress for her?", "luganda": "Ani yamugulira ekiteeteeyi ekyo?" }, { "english": "You are the pride of this family.", "luganda": "Ggwe asinga okwagalibwa mu maka gano." }, { "english": "Did you apologize to your mother?", "luganda": "Maama wo wamwetondedde?" }, { "english": "Why did you stop?", "luganda": "Lwaki wayimiridde?" }, { "english": "I know how to weave a basket.", "luganda": "Mmanyi okuluka ekibbo." }, { "english": "Is there anything to eat?", "luganda": "Waliwo eky'okulya kyonna?" }, { "english": "The musician was involved in an accident.", "luganda": "Omuyimbi yafuna akabenje." }, { "english": "How much is the registration fee?", "luganda": "Okuwandiisibwa kwetaagisa ssente mmeka?" }, { "english": "Am I dreaming or it is real?", "luganda": "Ndoota buloosi oba kituufu?" }, { "english": "Don’t leave right now.", "luganda": "Togenda kati." }, { "english": "Where is the nearest saloon?", "luganda": "Saaluuni ey'okumpi eri ludda wa?" }, { "english": "I like this song.", "luganda": "Oluyimba luno ndwagala." }, { "english": "Those are nice trousers.", "luganda": "Empale eyo nnungi." }, { "english": "I am happy with my current state of life.", "luganda": "Embeera y'obulamu bwange kati ensanyusa." }, { "english": "My wife is here to see the lawyer.", "luganda": "Mukyala wange azze kulaba munnamateeka." }, { "english": "Come closer and I tell you something.", "luganda": "Sembera mbeeko kye nkubuulira." }, { "english": "We are going to get timber from these trees.", "luganda": "Emiti gino tugenda kugisalamu mbaawo." }, { "english": "He said that the girl wasn’t his type.", "luganda": "Yagamba nti omuwala yali tamusaanira." }, { "english": "I found these kids playing from the road.", "luganda": "Abaana bano mbasanze bazannyira ku kkubo." }, { "english": "What is his latest song?", "luganda": "Luyimba ki lwe yaakafulumya?" }, { "english": "This boy likes being dressed in bright-colored clothing.", "luganda": "Omuleenzi ono ayagala nnyo okwambala engoye ezakaayakana." }, { "english": "Why did you say that to her?", "luganda": "Lwaki wakimugambye?" }, { "english": "All my sisters are wedded.", "luganda": "Bannyinaze bonna bafumbo." }, { "english": "She touched my shoulder gently.", "luganda": "Yankwata n'obwegendereza ku kibegaabega." }, { "english": "Do you know how much money I spent on transport?", "luganda": "Omanyi ssente mmeka ze nnakozesa mu kutambula?" }, { "english": "We had a nice engagement yesterday.", "luganda": "Olukungaana lwaffe jjo lwagenze bulungi." }, { "english": "Do you think you are a king?", "luganda": "Olowooza oli kabaka?" }, { "english": "Use the door on your left-hand side.", "luganda": "Kozesa oluggi oluli ku mukono gwo ogwa kkono." }, { "english": "Why don’t you get some sleep?", "luganda": "Lwaki teweebakako?" }, { "english": "This is not funny.", "luganda": "Kino tekisesa." }, { "english": "Do you know how it pains to lose a mother?", "luganda": "Omanyi bwe kiruma okufiirwa maama wo?" }, { "english": "Your phone is ringing.", "luganda": "Essimu yo evvuga." }, { "english": "I always greet people in the morning hours.", "luganda": "Nteera okulamusa abantu ku makya." }, { "english": "Come to my office immediately.", "luganda": "Jjangu mu ofiisi yange kati." }, { "english": "You have a black insect on your shirt.", "luganda": "Waliwo akawuka akaddugavu ku ssaati yo." }, { "english": "Remember to cut your nails short.", "luganda": "Jjukira okusala ku njala zo." }, { "english": "Why are you standing here alone?", "luganda": "Lwaki oyimiridde wano wekka?" }, { "english": "She has been sitting there since morning.", "luganda": "Okuva ku makya abadde attudde awo." }, { "english": "I was talking to my father on phone.", "luganda": "Mbadde njogera ne taata wange ku ssimu." }, { "english": "Why did you send the secretary away?", "luganda": "Lwaki omuwandiisi wamugoba?" }, { "english": "The house that they were building has collapsed.", "luganda": "Ennyumba gye babadde bazimba eggudde." }, { "english": "Why are your eyes red?", "luganda": "Lwaki amaaso go mammyufu?" }, { "english": "Pass me that cup of coffee.", "luganda": "Mpeereza ekikopo kya kaawa ekyo." }, { "english": "The taxis were scarce today.", "luganda": "Takisi zibadde ntono leero." }, { "english": "Why are you breathing like a rabbit?", "luganda": "Lwaki ossa ng'akamyu?" }, { "english": "Remove that book from the table.", "luganda": "Ekitabo ekyo kiggye ku mmeeza." }, { "english": "I am sorry for abusing you.", "luganda": "Nsonyiwa olw'okukuvuma." }, { "english": "You have taken long in there.", "luganda": "Oluddeyo nnyo." }, { "english": "Isn't that your father?", "luganda": "Oyo si ye kitaawo?" }, { "english": "I am going to sell this radio.", "luganda": "Leeddiyo eno ngenda kugitunda." }, { "english": "We are currently not allowing visitors.", "luganda": "Mu kiseera kino tetukkiriza bagenyi." }, { "english": "This hotel is always closed every first day of the week.", "luganda": "Wooteeri eno etera kuba nziggale ku buli lunaku olusooka mu wiiki." }, { "english": "Your father speaks slowly.", "luganda": "Kitaawo ayogera mpolampola." }, { "english": "Why do you always ask for money every time?", "luganda": "Lwaki otera okusaba ssente buli kiseera?" }, { "english": "Fill that jerrycan with water.", "luganda": "Ekidommola ekyo kifukeemu amazzi kijjule." }, { "english": "I am not feeling well today.", "luganda": "Leero siwulira bulungi." }, { "english": "I have been listening attentively to the news.", "luganda": "Mbadde mpuliriza bulungi amawulire." }, { "english": "What are the names of your first two daughters?", "luganda": "Bawala bo ababiri abasooka bayitibwa batya?" }, { "english": "Why are you dragging my mother in this?", "luganda": "Lwaki maama wange omuyingiza mu bino?" }, { "english": "It’s going to rain.", "luganda": "Enkuba egenda kutonnya." }, { "english": "What are you doing up there?", "luganda": "Eyo okolayo ki?" }, { "english": "Which song is that?", "luganda": "Luyimba ki olwo?" }, { "english": "My uncle is a retired primary school teacher.", "luganda": "Kojja wange yali musomesa." }, { "english": "The hospital has asked for five million Uganda Shillings to work on the patient.", "luganda": "Eddwaliro lisabye obukadde butaano obw'ensimbe za Uganda okusobola okukola ku mulwadde." }, { "english": "How could you do that?", "luganda": "Osobola otya okukola ekyo?" }, { "english": "It has been raining these days.", "luganda": "Enkuba ebadde etonnya ennaku zino." }, { "english": "How much do you receive at the end of the month?", "luganda": "Ssente mmeka z'ofuna ku nkomerero y'omwezi?" }, { "english": "The goats have drunk the water that was in the basin.", "luganda": "Embuzi zinywedde amazzi agabadde mu bbenseni." }, { "english": "The disease has affected the coffee business.", "luganda": "Ekirwadde kikoseza bizineesi y'emmwannyi." }, { "english": "Is there any insect moving on my head?", "luganda": "Waliwo ekiwuka kyonna ekitambulira ku mutwe gwange?" }, { "english": "Where am I going to get all that money from?", "luganda": "Sssente ezo zonna Ngenda kuziggya ludda wa?" }, { "english": "The company is facing a difficult time.", "luganda": "Kampuni eyolekaganye n'ekizibu kya maanyi." }, { "english": "I retired ten years ago.", "luganda": "Nnawummula emyaka kkumi emabega." }, { "english": "Let us wait for the minister's announcement today.", "luganda": "Ka tulinde ekirango kya minisita leero." }, { "english": "He refused to clean the house.", "luganda": "Yagaanye okuyonja ennyumba." }, { "english": "My father has been laid off.", "luganda": "Kitange ayimiriziddwa ku mulimu." }, { "english": "I know some money lenders.", "luganda": "Waliwo abawola ssente be mmanyi." }, { "english": "We need to be at home by two o'clock.", "luganda": "Tulina okuba nga tuli waka ku ssaawa munaana." }, { "english": "Have you paid all the school fees?", "luganda": "Ebisale by'essomero byonna obisasudde?" }, { "english": "The tea is still hot.", "luganda": "Kyaayi akyayokya." }, { "english": "I have up to tomorrow to hand in the assignment.", "luganda": "Nsigazizza lwa nkya lwokka okuwaayo omulimu gwange." }, { "english": "Why did you keep quiet?", "luganda": "Lwaki wasirika busirisi?" }, { "english": "I am here watching television.", "luganda": "Ndi wano ndaba ttivi." }, { "english": "This is the man that your father was referring to.", "luganda": "Ono ye musajja kitaawo gwe yabadde ayogerako." }, { "english": "I am going to eat one slice of bread.", "luganda": "Ngenda kulya akabajjo kamu ak'omugaati." }, { "english": "The bank lending rates are high.", "luganda": "Amagoba bbanka kw'ekuwolera ssente gali waggulu." }, { "english": "Are you sure about selling this house?", "luganda": "Okakasa ennyumba eno ogenda kugitunda?" }, { "english": "Why do you abuse your friends?", "luganda": "Lwaki muno omuvuma?" }, { "english": "My teachers used to say that we have to become problem solvers.", "luganda": "Abasomesa bange baagambanga nti tulina okuba abantu abasobola okugonjoola ebizibu." }, { "english": "Call me after thirty minutes.", "luganda": "Nkubira oluvannyumba lw'edaakika asatu." }, { "english": "I thought I would never see you again.", "luganda": "Mbadde ndowooza siriddayo kukulabako nate." }, { "english": "When are we getting paid?", "luganda": "Tusasulwa ddi?" }, { "english": "Do you know how to pray the rosary?", "luganda": "Omanyi okusoma sapuli?" }, { "english": "Take off that shirt and wash it.", "luganda": "Essaati eyo giggyemu ogyozze." }, { "english": "The government had promised to send us some money.", "luganda": "Gavumenti yali esuubizza okutuweereza ssente." }, { "english": "I said all the prayers that I know.", "luganda": "Nnasaba essaala zonna zemmanyi." }, { "english": "May I have your attention please?", "luganda": "Mbasaba mumpulirizeeko." }, { "english": "Let me go and see what I can do.", "luganda": "Ka ngende ndabe kye nnyinza okukola." }, { "english": "Your name reminds me of someone.", "luganda": "Erinnya lyo lirina gwe linzijjukiza." }, { "english": "You won't be late.", "luganda": "Tojja kutuuka kikeerezi." }, { "english": "Is there soap in the bathroom?", "luganda": "Mu kinaabiro eriyo ssabbuuni?" }, { "english": "There are a few driving schools around here.", "luganda": "Mu kitundu kino mulimu amasomero matono agayigiriza okuvuga mmotoka." }, { "english": "I have been stressed for the whole day.", "luganda": "Olunaku luno lwonna mbadde mwennyamivu." }, { "english": "Did you comb your hair?", "luganda": "Enviiri zo wazikubye?" }, { "english": "I bought some jack fruit from the market.", "luganda": "Nnaguzeeyo ku ffenne mu katale." }, { "english": "Surely you are not okay.", "luganda": "Mu butuufu toli bulungi." }, { "english": "The government has bought a new police uniform.", "luganda": "Gavumenti eguze yunifoomu empya eya poliisi." }, { "english": "I can cause you to be arrested.", "luganda": "Nnyinza okukusibisa." }, { "english": "This guy is determined to build the house.", "luganda": "Omusajja ono amaliridde okuzimba ennyumba." }, { "english": "Sometimes you don’t have to insist on being right.", "luganda": "Oluusi tekikwetaagisa kukalambira ku kuba nti gwe mutuufu." }, { "english": "Is there a garage here?", "luganda": "Waliwo galagi mu kitundu kino?" }, { "english": "We shall be having the meeting in twenty minutes.", "luganda": "Tujja kuba n'olukungaana mu ddaakika abiri eziddako." }, { "english": "You are free to enter.", "luganda": "Oli wa ddembe okuyingira." }, { "english": "Why are people impatient these days?", "luganda": "Lwaki ennaku zino abantu tebakyalina bugumiikiriza?" }, { "english": "I have a lot on my mind.", "luganda": "Nnina bingi bye ndowoozaako." }, { "english": "You pretend as if everything is okay.", "luganda": "Owa ekifaananyi nti buli kimu kiri bulungi." }, { "english": "What is your friend up to?", "luganda": "Mukwano gwo ali ku ki?" }, { "english": "You left your radio here last night.", "luganda": "Leeddiyo yo wagirese wano ekiro." }, { "english": "Can you help us to design a company logo?", "luganda": "Oyinza okutuyamba okukola akabonero ka kampuni?" }, { "english": "Why don’t you have your business insured?", "luganda": "Lwaki bizineesi yo togissa mu yinsuwa?" }, { "english": "We are not the same.", "luganda": "Tetuli bamu." }, { "english": "Let us talk about something different.", "luganda": "Ka twogere ku kintu eky'enjawulo." }, { "english": "When did you get married?", "luganda": "Wafumbirwa ddi?" }, { "english": "My friend sent his greetings to you.", "luganda": "Mukwano gwange yabatumira." }, { "english": "I watched the movie with my family.", "luganda": "Akazannyo nnakalaba n'ab'omu maka gange." }, { "english": "Have you checked on your mother lately?", "luganda": "Wakyalirako maama wo gyebuvuddeko awo?" }, { "english": "Do you know how I feel about you?", "luganda": "Ommanyi enneewulira gye nnina gyoli?" }, { "english": "The moment he closed his eyes tears started rolling.", "luganda": "Bwe yazibiriza amaaso awo amaziga ne gatandikirawo okukulukuta." }, { "english": "Why are you using a lot of words to talk about yourself?", "luganda": "Lwaki okozesa ebigambo bingi nga weeyogerako?" }, { "english": "My father has paid all my school fees.", "luganda": "Kitange ansasulidde ebisale by'essomero byonna." }, { "english": "It is not wise to buy a car at this time.", "luganda": "Si kya magezi okugula emmotoka mu kiseera kino." }, { "english": "Tell the manager to increase our salaries.", "luganda": "Maneja mugambe ayongeze ku musaala gwaffe." }, { "english": "Do you know the password to his phone?", "luganda": "Omanyi ennamba z'onnyiga okusobola okuggulawo essimu eno?" }, { "english": "I work with an insurance company.", "luganda": "Nkola ne kampuni ya yinsuwa." }, { "english": "What do you have to say about this pregnancy?", "luganda": "Olubuto luno olwogerako ki?" }, { "english": "I don’t have any money left on me.", "luganda": "Ssisigazizzaawo ssente yonna." }, { "english": "Someone helped me to cross the river.", "luganda": "Waliwo annyambyeko okusomoka omugga." }, { "english": "Most people will never treat you kindly.", "luganda": "Abantu abasinga obungi tebajja kukuyisa bulungi." }, { "english": "I am into the money lending business.", "luganda": "Nkola mulimu gwa kuwola bantu ssente." }, { "english": "The fish jumped back into the water.", "luganda": "Ekyennyanja kyabuuka ne kiddayo mu mazzi." }, { "english": "How may I help you?", "luganda": "Nkuyambe ntya?" }, { "english": "I have bad news for you.", "luganda": "Amawulire ge ngenda okukubuulira mabi." }, { "english": "Do you know his address?", "luganda": "Omanyi gy'abeera?" }, { "english": "What are you carrying in that bag?", "luganda": "Kiki ky'ositulidde mu nsawo eyo?" }, { "english": "Is there anyone who doesn't know you?", "luganda": "Waliwo omuntu yenna atakumanyi?" }, { "english": "The moderator asked her a lot of questions.", "luganda": "Omukwanaganya yamubuuza ebibuuzo bingi nnyo." }, { "english": "It's too early to predict how the game will end.", "luganda": "Sikyangu kuteebeereza mu kiseera kino engeri omuzannyo gye gunaakomekkerezebwamu." }, { "english": "Some people die from prison.", "luganda": "Abantu abamu bafiira mu kkomera." }, { "english": "The bank has given me up to Wednesday to have paid the loan.", "luganda": "Bbanka empadde Lwakusatu lwokka okuba nga mmaze okusasula ssente ze nneewola." }, { "english": "I can't see clearly because of the rain.", "luganda": "Sisobola kulaba bulungi olw'enkuba etonnya." }, { "english": "May her soul rest in peace.", "luganda": "Emmeeme ye ewummule mirembe." }, { "english": "This story is making me uncomfortable.", "luganda": "Ebyafaayo bino bitaataaganyizza ebirowoozo byange." }, { "english": "You have to be there for your brother.", "luganda": "Olina okubeererawo muganda wo." }, { "english": "What were you thinking?", "luganda": "Wabadde olowooza ki?" }, { "english": "The motorcycle rider asked me for my phone number.", "luganda": "Omuvvuzi wa pikipiki yansabye ennamba yange ey'essimu." }, { "english": "What do you want your child to be in the future?", "luganda": "Omwana wo oyagala abeere ki mu biseera eby'omu maaso?" }, { "english": "The driver called me by a certain name.", "luganda": "Ddereeva alina erinnya lye yampise." }, { "english": "You have to hand in your report by Friday.", "luganda": "Alipoota yo olina okugiwaayo obutasukka Lwakutaano." }, { "english": "Someone has entered in there.", "luganda": "Waliwo ayingiddeyo." }, { "english": "Where do you keep your records?", "luganda": "Ebiwandiiko byo obitereka ludda wa?" }, { "english": "I am looking for the manager's office.", "luganda": "Nnoonya ofiisi ya maneja." }, { "english": "This is where the fight started from.", "luganda": "Wano okulwana we kwatandikira." }, { "english": "Did he call you?", "luganda": "Yakukubira?" }, { "english": "Have you been running?", "luganda": "Obadde odduka?" }, { "english": "What can one do without money?", "luganda": "Kiki omuntu ky'ayinza okukola awatali ssente?" }, { "english": "Who is that playing with the door?", "luganda": "Ani oyo azannyira ku luggi?" }, { "english": "Why didn’t you tell me that you are coming?", "luganda": "Lwaki tewangaambye nti ojja?" }, { "english": "Don’t keep me waiting please.", "luganda": "Nkusaba oleme kunnindisa." }, { "english": "He said that he was not here to play any games.", "luganda": "Yagamba nti yali tazze wano kuzannya buzannyi mizannyo." }, { "english": "I am going to leave the door open.", "luganda": "Oluggi ngenda kululeka nga luggule." }, { "english": "May I have the food delivered to my office?", "luganda": "Emmeere muyinza okugireeta mu ofiisi yange?" }, { "english": "Our economy is struggling to revive.", "luganda": "Eby'enfuna byaffe bigenda biddawo." }, { "english": "I am not doing business with you.", "luganda": "Ssikola bizineesi naawe." }, { "english": "How can you treat your best friend as an enemy?", "luganda": "Mukwano gwo nfaanfe oyinza otya okumuyisa ng'omulabe?" }, { "english": "What has happened to the light in your room?", "luganda": "Ekitangaala eky'omu kisenge kyo kibadde ki?" }, { "english": "Go and check on the dogs outside.", "luganda": "Genda okebere ku mbwa ebweru." }, { "english": "You have to pay my money in three months.", "luganda": "Ssente zange olina okuzisasulira mu myezi essatu." }, { "english": "We made few profits in the last two years.", "luganda": "Twakola amagoba matonotono mu myaka ebiri egiyise." }, { "english": "For how long will I study this course?", "luganda": "Nnamala bbanga ki nga nsoma kkoosi eno?" }, { "english": "I was never prepared for this weather.", "luganda": "Obudde buno ssaabwetegekera." }, { "english": "There is ink in your pocket.", "luganda": "Mu nsawo yo mulimu bwiino." }, { "english": "My neck is paining.", "luganda": "Ensingo ennuma." }, { "english": "Do you deliver food to people's homes?", "luganda": "Emmere ogitwalira abantu mu maka gaabwe?" }, { "english": "Where are you rushing to?", "luganda": "Oyanguwa olaga wa?" }, { "english": "He keeps his money with the bank.", "luganda": "Ssente ze azitereka mu bbanka." }, { "english": "How many books do you want?", "luganda": "Oyagala ebitabo bimmeka?" }, { "english": "I expected to see you yesterday.", "luganda": "Nnabadde nsuubira kukulaba lunaku lwa jjo." }, { "english": "Where did you get this money from?", "luganda": "Ssente zino waziggya wa?" }, { "english": "This world is not fair.", "luganda": "Ensi eno teriimu bwenkanya." }, { "english": "I don’t have electricity at my place.", "luganda": "Ewange sirinayo masanyalaze." }, { "english": "What is in the envelope?", "luganda": "Kiki ekiri mu bbaasa?" }, { "english": "This is the picture of the girl that we buried today.", "luganda": "Kino kye kifaananyi ky'omuwala gwe twaziise olunaku lwa jjo." }, { "english": "I am looking for a new shop attendant.", "luganda": "Nnoonya omukozi w'omuduuka omupya." }, { "english": "Do you really need a car?", "luganda": "Ddala weetaaga emmotoka?" }, { "english": "What are you writing?", "luganda": "Owandiika ki?" }, { "english": "You need to take a bath.", "luganda": "Weetaaga okunaaba." }, { "english": "Pass me that book on top of the speaker.", "luganda": "Mpeereza ekitabo ekyo ekiri waggulu ku kazindaalo." }, { "english": "Have you been successful in getting the loan?", "luganda": "Osobodde okuwolebwa ssente?" }, { "english": "I have been relieved.", "luganda": "Mpewuddwako." }, { "english": "My son has promised to send me some money.", "luganda": "Mutabani wange ansuubizza okumpeereza ssente." }, { "english": "At what time does the bank close?", "luganda": "Bbanka eggalawo ssaawa mmeka?" }, { "english": "I am blessed to have you in my life.", "luganda": "Nnina omukisa gwa maanyi nnyo okubeera nnaawe?" }, { "english": "You must be drunk now.", "luganda": "Oteekwa okuba nga kati otamidde." }, { "english": "Where will I benefit from?", "luganda": "Nze nnaafuniramu wa?" }, { "english": "Your husband is cheating on you.", "luganda": "Mwami wo ayenda." }, { "english": "She used to be a teacher.", "luganda": "Yalinga musomesa." }, { "english": "This letter was written by your son.", "luganda": "Ebbaluwa eno mutabani wo ye yagiwandiika." }, { "english": "We promise to offer you the best meals.", "luganda": "Tukusuubiza okukuwa emmere esingayo obulungi." }, { "english": "The university is receiving applications from those who want to join this year.", "luganda": "Yunivasite etandise okufuna okusaba kw'abo abaagala okugiyingira omwaka guno." }, { "english": "Always keep your password to yourself.", "luganda": "Paasiwadi yo togibuulira muntu yenna." }, { "english": "He sent me the money a day later.", "luganda": "Ssente yazimpeereza nga wayiseewo olunaku lumu." }, { "english": "The police arrested the people that were found in that bar.", "luganda": "Poliisi yakwata abantu abaasangibwa mu bbaala eyo." }, { "english": "You have a smooth skin.", "luganda": "Olina olususu oluweeweevu." }, { "english": "The children have been anxiously waiting for you.", "luganda": "Abaana babadde bakulindiridde." }, { "english": "I need that cup.", "luganda": "Ekikopo ekyo nga nkyagala." }, { "english": "Your hands are too soft.", "luganda": "Emikono gyo mmimpi nnyo." }, { "english": "He reminded me of something that we saw yesterday.", "luganda": "Anzijjukizza ekintu kye twalabye olunaku lwa jjo." }, { "english": "I found them hugging each other.", "luganda": "Mbasanze banywegeragana." }, { "english": "Tell me what your name is.", "luganda": "Mbuulira erinnya lyo." }, { "english": "He promised to kill the thieves.", "luganda": "Yagamba nti ajja kutta ababbi." }, { "english": "I will give you what you need.", "luganda": "Njakukuwa kye weetaaga." }, { "english": "What have I done to you?", "luganda": "Nkukoze ki?" }, { "english": "My father is not in support of our relationship.", "luganda": "Kitange tawagira nkolagana yaffe." }, { "english": "I work at the same place with my husband.", "luganda": "Nze n'omwami wange tukolera mu kifo kye kimu." }, { "english": "I am going to use the train.", "luganda": "Ngenda kukozesa gaali ya mukka." }, { "english": "He said that he can't marry her.", "luganda": "Yagamba nti tayinza kumuwasa." }, { "english": "I heard your song on the radio.", "luganda": "Oluyimba lwo nnaluwulira ku leeddiyo." }, { "english": "We take different paths in life.", "luganda": "Tukola ebintu bya njawulo mu bulamu." }, { "english": "This pen was given to me by my primary school teacher.", "luganda": "Bayiro eno yampeebwa omusomesa wange owa pulayimale." }, { "english": "How fast can that bank work on my loan?", "luganda": "Bbanka eyo esobola kukozesa bwangu ki okumpola ssente?" }, { "english": "The cat has poured milk on the carpet.", "luganda": "Kappa eyiye amata ku kapeti." }, { "english": "You will be arrested for the rest of your life.", "luganda": "Bajja kukusiba obulamu bwo bwonna." }, { "english": "Is she the right woman for you?", "luganda": "Ye mukyala akugwaanira?" }, { "english": "The photocopier that I bought recently is a duplicate.", "luganda": "Ekyuma ekyokeesaamu empapula kye nnagula gye buvuddeko awo kikyupuli." }, { "english": "My wife earns more money than I do.", "luganda": "Mukyala wange afuna ssente nnyingi okunsinga." }, { "english": "The hen has spent three days without laying on its eggs.", "luganda": "Enkoko emmaze ennaku ssatu nga temaamira." }, { "english": "She did not grow up with her parents.", "luganda": "Teyakula na bazadde be." }, { "english": "The sheep have been running around my compound.", "luganda": "Endiga ebadde eddukira mu luggya lwange." }, { "english": "You need a lot of money to build a good house.", "luganda": "Weetaaga ssente nnyingi okusobola okuzimba ennyumba ennungi." }, { "english": "A certain woman called me this morning claiming to be your teacher.", "luganda": "Waliwo omukazi eyankubidde essimu ku makya ng'agamba nti musomesa wo." }, { "english": "Do you want her help or not?", "luganda": "Weetaaga obuyambi bwe oba nedda?" }, { "english": "He is searching for a woman to marry.", "luganda": "Onoonya mukazi wa kuwasa." }, { "english": "I will not be able to meet you next week.", "luganda": "Ssijja kusobola kukusisinkana wiiki ejja." }, { "english": "He hasn’t paid this month's rent.", "luganda": "Tannasasula ssente za nnyumba omwezi guno." }, { "english": "She knows how to weave baskets.", "luganda": "Amanyi okuluka ebibbo." }, { "english": "Why is he peeping through the window?", "luganda": "Lwaki alingiririza mu ddirisa?" }, { "english": "Thank you for cleaning the sitting room.", "luganda": "Weebale kuyonja ddiiro." }, { "english": "Call me after one hour.", "luganda": "Nkubira oluvannyuma lw'essaawa emu." }, { "english": "I have not yet fried my egg.", "luganda": "Sinnaba kusiika ggi lyange." }, { "english": "Don’t put the baby on the table.", "luganda": "Omwana tomuteeka ku mmeeza." }, { "english": "The picture was stuck on the wall with tape.", "luganda": "Baakozesa gaamu okuttimba ekifaananyi ku kisenge." }, { "english": "You have a nice watch.", "luganda": "Olina essaawa ennungi." }, { "english": "That is where she hangs her dresses.", "luganda": "Awo w'awanika engoye ze." }, { "english": "I have washed my mosquito net.", "luganda": "Akattimba kange ak'ensiri nkozezza." }, { "english": "Do you know where to find the keys?", "luganda": "Omanyi w'onoosanga ebisumuluzo?" }, { "english": "You need to reduce the time spent in the bar.", "luganda": "Olina okukendeeza ku budde bw'omala mu bbaala." }, { "english": "This room can contain more than ten people.", "luganda": "Ekisenge kino kiyinza okuggyaamu abantu abasukka mu kkumi." }, { "english": "There is no food left in the store.", "luganda": "Emmere eweddemu mu sitoowa." }, { "english": "Did you see the rainbow?", "luganda": "Musoke wamulabye?" }, { "english": "I am going to buy juice.", "luganda": "Ngenda kugula omubisi." }, { "english": "Are you serious about the suspension?", "luganda": "Okikakasa nti baakugobye?" }, { "english": "I want to put these chairs in one corner.", "luganda": "Entebe zino njagala kuziteeka ku nsonda emu." }, { "english": "What is the agenda of this meeting?", "luganda": "Biki ebigenda okwogerwako mu lukungaana luno?" }, { "english": "I am already scared.", "luganda": "Ntidde." }, { "english": "Where can I start from?", "luganda": "Ntandikire wa?" }, { "english": "Don’t be afraid everything will be fine.", "luganda": "Totya buli kimu kijja kuba bulungi." }, { "english": "I am going to look at the stars.", "luganda": "Ngenda kutunuulira mmunyeenye." }, { "english": "Why do you pretend as if you care?", "luganda": "Lwaki weetwala okuba ng'afaayo?" }, { "english": "I am sorry about what I said the other day.", "luganda": "Munsonyiwe bye nnayogera ku lunaku luli." }, { "english": "We are offering scholarships to vulnerable children.", "luganda": "Sikaala tuziwa baana abateesobola." }, { "english": "I am glad that you are safe.", "luganda": "Ndi musanyufu nti oli bulungi." }, { "english": "She has an attractive smile.", "luganda": "Amwenya bulungi." }, { "english": "Let us face life together.", "luganda": "Obulamu ka tubwangaange ffembi." }, { "english": "My mother has woken up.", "luganda": "Maama wange azuukuse." }, { "english": "I normally write down whatever comes to my mind.", "luganda": "Ntera okuwandiika buli ekiba kinzijjidde mu birowoozo." }, { "english": "Follow me to the backyard.", "luganda": "Ngoberera emmanju." }, { "english": "When did you dream about this woman?", "luganda": "Omukyala ono wamuloota ddi?" }, { "english": "I sent this letter a year ago.", "luganda": "Ebbaluwa eno nnagiweereza omwaka gumu emmabega." }, { "english": "The baby is beautiful.", "luganda": "Akaana kalabika bulungi." }, { "english": "Extend your sit to the wall.", "luganda": "Entebe yo gyongereyo ku kisenge." }, { "english": "Whose daughter is that?", "luganda": "Oyo muwala w'ani?" }, { "english": "You have many things to work on.", "luganda": "Olina ebintu bingi eby'okukolako." }, { "english": "Let me even go and wash my cup.", "luganda": "Ka ngende n'okugenda njoze ekikopo kyange." }, { "english": "I can walk you to your home.", "luganda": "Nsobola okukuwerekerako ewuwo." }, { "english": "This is a nice picture.", "luganda": "Kino kifaananyi kirungi." }, { "english": "Are we doing this again?", "luganda": "Kino tugenda kuddamu okukikola?" }, { "english": "She didn’t want me to leave.", "luganda": "Yali tayagala ngende." }, { "english": "How much are you going to charge me?", "luganda": "Ogenda kunsaba ssente mmeka?" }, { "english": "Listen attentively to that song.", "luganda": "Oluyimba olwo luwulirize bulungi." }, { "english": "I am also wondering why you told her your name.", "luganda": "Nnange nneebuuza ensonga lwaki wamubuulidde erinnya lyo." }, { "english": "You are imagining a lot of things in your head.", "luganda": "Olina ebintu bingi by'okubako akafaananyi mu bwongo bwo." }, { "english": "You surely can't sleep when you have problems to solve.", "luganda": "Mu butuufu tosobola kwebaka ng'olina ekizibu ky'oyagala okugonjoola." }, { "english": "The week is almost coming to an end.", "luganda": "Wiiki enneetera okuggwaako." }, { "english": "Where do you want to go this afternoon?", "luganda": "Ludda wa gy'oyogala okugenda olweggulo luno?" }, { "english": "Some people think that we have a lot of money.", "luganda": "Abantu abamu balowooza nti tulina ssente nnyingi." }, { "english": "Today's driver is the best!", "luganda": "Ddereeva wa leero y'asinga okuvuga obulungi." }, { "english": "What is your room number?", "luganda": "Eksenge kyo nnamba ki?" }, { "english": "Try cleaning the windows at least.", "luganda": "Gezaako waakiri okuyonja amaddirisa." }, { "english": "This year must be better than last year.", "luganda": "Omwaka guno guteekwa okuba omulungi okusinga oguwedde." }, { "english": "Don’t worry about the money.", "luganda": "Teweeraliikirira ssente." }, { "english": "There are a lot of people coming in to see the doctor.", "luganda": "Waliwo abantu bangi abajja okulaba omusawo." }, { "english": "That is not a formal greeting.", "luganda": "Bwebatyo si bwe babuuza." }, { "english": "Allow me to settle down first.", "luganda": "Ndeka nsooke nzikkakkane." }, { "english": "I don’t want anyone to know about this conversation.", "luganda": "Ssagala muntu yenna amanye bino bye twogerako." }, { "english": "This girl is good at lying.", "luganda": "Omuwala ono mulimba nnyo." }, { "english": "The teacher said that he can't see my results.", "luganda": "Omusomesa yagamba nti ebyange ebyava mu bigezo tabiraba." }, { "english": "Do you have any vacancies at your company?", "luganda": "Mulina eddagala ery'okugema mu kampuni yammwe?" }, { "english": "Why didn’t you clean up your room?", "luganda": "Lwaki tewalongoosezza kisenge kyo?" }, { "english": "You have a strong perfume.", "luganda": "Akaloosa k'olina ka maanyi nnyo." }, { "english": "I haven't used this desk in a while.", "luganda": "Mmaze ebbanga ng'emmeeza eno sigikozesa." }, { "english": "The room is stuffy.", "luganda": "Ekisenge kiwanya bubi." }, { "english": "Your friend is disorganized.", "luganda": "Mukwano gwo ebintu by'akola bikyankalamu." }, { "english": "Can't you chew with your mouth shut?", "luganda": "Toyinza kugaaya ng'obunidde?" }, { "english": "Things have changed over time.", "luganda": "Ebintu bikyuse nnyo ensangi zino." }, { "english": "I am the one who sang that song.", "luganda": "Nze nnayimba oluyimba olwo." }, { "english": "I can only work if the salary is good.", "luganda": "Nsobola okukola singa omusaala guba mulungi." }, { "english": "The person that you are talking to is asleep.", "luganda": "Omuntu gw'oyogera naye yeebase." }, { "english": "You have such a bigfoot.", "luganda": "Olina ekigere kinene nnyo." }, { "english": "The party will be starting soon.", "luganda": "Embaga eri kumpi kutandika." }, { "english": "We shall be announcing the winner at midnight.", "luganda": "Omuwanguzi tujja kumulangirira mu ttumbi." }, { "english": "Why are you raising your hands?", "luganda": "Lwaki owanika emikono gyo?" }, { "english": "How many bottles has he drunk so far?", "luganda": "Y'akanywa ekyuppa mmeka?" }, { "english": "I will be visiting you next week.", "luganda": "Nja kukukyalira wiiki ejja." }, { "english": "That boy spoilt my art piece.", "luganda": "Omulenzi oyo yayonoona ekifaananyi kyange." }, { "english": "Most of the rich people will be at the meeting.", "luganda": "Abagagga abasinga obungi bajja kubeerayo ku lukungaana." }, { "english": "Who is the woman you came with at home?", "luganda": "Omukazi gwe wajja naye eka y'ani?" }, { "english": "What are you going to wear to the party?", "luganda": "Ogenda kwambala ki ku kabaga?" }, { "english": "I know someone who can drive you around town.", "luganda": "Mmanyi omuntu ayinza okukuvuga okukwetooloza ekibuga." }, { "english": "Your mother will be fine soon.", "luganda": "Maama ajja kutereera mangu." }, { "english": "I am waiting for you on the second floor.", "luganda": "Nkulinze ku mwaliriro ogw'okubiri." }, { "english": "I have been ironing my clothes.", "luganda": "Mbadde ngoloola ngoye zange." }, { "english": "What plans do you have for the weekend?", "luganda": "Olina pulaani ki ku wiikendi eno?" }, { "english": "I will buy for you thirty bags of cement.", "luganda": "Nja kukugulira ensawo za seminti amakumi asatu." }, { "english": "Will you be around for tea this evening?", "luganda": "Onnojja tunywe ku kakyayi akawungeezi kano?" }, { "english": "I met him at the office.", "luganda": "Nnamusanga ku ofiisi." }, { "english": "Did you receive the invitation letter?", "luganda": "Wafunye ebbaluwa ekuyita okubaawo?" }, { "english": "May I borrow your suit?", "luganda": "Nneeyazike ku suuti yo?" }, { "english": "Someone stole my six pairs of socks.", "luganda": "Waliwo eyabba sitokisi zange emigoggo mukaaga." }, { "english": "My girlfriend is too shy.", "luganda": "Muganzi wange alina ensonyi nnyingi." }, { "english": "Please take the front seat.", "luganda": "Tuula mu maaso." }, { "english": "He didn’t want me to leave the netball team.", "luganda": "Teyayagala nve mu ttiimu y'ababasi b'omupiira." }, { "english": "Your room is too dirty.", "luganda": "Ekisenge kyo kikyaafu nnyo." }, { "english": "I am listening to music.", "luganda": "Mpuliriza nnyimba." }, { "english": "My friends are going to come to my place.", "luganda": "Mikwano gyange bagenda kujja ewange." }, { "english": "Do you want to rape me?", "luganda": "Oyagala kunkwata?" }, { "english": "This is the best hotel in town.", "luganda": "Eno ye wooteeri esingayo obulungi mu tawuni eno." }, { "english": "Why don’t you stay at home?", "luganda": "Lwaki tosigala waka?" }, { "english": "He has bought a new car.", "luganda": "Aguze emmotoka empya." }, { "english": "We were treated kindly at your home.", "luganda": "Twayisibwa bulungi ewammye." }, { "english": "He came with a beautiful girl to the party.", "luganda": "Yajja ku mbaga n'omuwala alabika obulungi." }, { "english": "My uncle bought a big piece of land at a very low price.", "luganda": "Kojjange yagula ettaka ddene nnyo ku ssente ntono." }, { "english": "I spend most of my time in the flower garden.", "luganda": "Ebiseera byange ebisinga obungi mbimalira mu nnimiro yange ey'ebimuli." }, { "english": "At what time did you leave office?", "luganda": "Mu ofiisi wavuddeyo ku ssaawa mmeka?" }, { "english": "Go and play with your friends.", "luganda": "Genda ozannye ne mikwano gyo." }, { "english": "The ceiling has started to crack.", "luganda": "Silingi ettandise okufuna enjattika." }, { "english": "I found a lot of cobwebs in that corner.", "luganda": "Nnasanze ebiyumba bya nnabbubi bingi mu kasonda ako." }, { "english": "Don’t lean on the walls.", "luganda": "Tewesigama ku kisenge." }, { "english": "We took the photos from that studio.", "luganda": "Ebifaananyi twabyekubisizza mu situdiyo eyo." }, { "english": "Who has brought this metal here?", "luganda": "Ani yaleese ekyuma kino wano?" }, { "english": "He was awarded a gold medal at the competition.", "luganda": "Yaweebwa omudaali ogwa zzaabu." }, { "english": "The whole group of friends was charged for her kidnapping.", "luganda": "Ab'emikwano bonna baavunaanibwa omusango olw'okumuwamba." }, { "english": "She accused her sister of stealing her dress.", "luganda": "Yavvunaana muganda we olw'okubba ekiteeteeyi kye." }, { "english": "His business made a loss of twenty million Uganda shillings.", "luganda": "Bizineesi ye yafiirwa obukadde amakumi abiri mu za Uganda." }, { "english": "The junior officers had to work extra hours because their workload increased.", "luganda": "Ba ofiisa abali ku ddaala erya wansi baalina okwongera ku budde bwe bakola kubanga emirimu gyali gyeyongedde obungi." }, { "english": "The engineer didn't supervise the construction of the apartment building.", "luganda": "Yinginiya teyalabirira mulimu gw'okuzimba ebizimbe." }, { "english": "The school has not prepared for the prefects' elections.", "luganda": "Essomero terikoze nteekateeka yonna ey'okulonda abaana abakulembera bannaabwe." }, { "english": "The doctor told the press there were no guidelines to contain the virus.", "luganda": "Dokita yagamba bannamawulire nti tewaliiwo bulagirizi bwonna ku ngeri y'okulwanyisaamu ekirwadde." }, { "english": "There were no Local Council Three elections last year.", "luganda": "Omwaka oguwedde tewaaliiwo kulonda kwa ba LC III." }, { "english": "There was little hope that the elections would happen.", "luganda": "Kibadde tekisuubirwa nnyo nti okulonda kunnaabaawo." }, { "english": "He was given disease-free bean seedlings last season.", "luganda": "Mu sizoni ewedde yaweebwa ensigo z'ebinjanjalo ezitalumbibwa ndwadde." }, { "english": "His crops dried up due to insufficient water.", "luganda": "Ebirime bye byakala olw'okubulwa amazzi agamala." }, { "english": "He bought land in that region just before the oil was discovered.", "luganda": "Yagula ettaka mu kitundu ekyo nga amafuta tegannazuulwamu." }, { "english": "He sold his land to his friend at one billion Uganda shillings.", "luganda": "Yaguza mukwano gwe ettaka ku kawumbi kamu mu za Uganda." }, { "english": "She hoped her land would be more valuable in ten years.", "luganda": "Yalowooza nti mu myaka kkumi mu maaso ettaka lye lyandibadde lirinye nnyo bbeeyi." }, { "english": "They were required to gather very many signatures for the petition to be approved.", "luganda": "Kyali kibeetaagisa okukungaanya emikono mingi nnyo okusaba kwabwe okusobola okukkirizibwa." }, { "english": "There was no law against walking after three o'clock in the morning.", "luganda": "Tewaaliwo tteeka likugira kutambula oluvannyuma lw'essaawa mwenda ez'ekiro." }, { "english": "He filed a petition for a vote recount.", "luganda": "Yawaaba omusango ng'aygala obululu buddemu okubalibwa." }, { "english": "He expected an apology from his mother for abandoning him at an early age.", "luganda": "Yali asuubira nti maama we ajja kumwetondera olw'okumusulawo ng'akyali muto." }, { "english": "The two leaders met to talk about the ongoing situation.", "luganda": "Abakulembeze ababiri baasisinkana basobole okwogera ku mbeera eyali egenda mu maaso." }, { "english": "Some students complained to the dean of the college about their missing results.", "luganda": "Abayizi abamu beemulugunyiza akulira essomero ku bikwata ku bigezo ebyali bibuze." }, { "english": "All the students were expected to participate in the elections.", "luganda": "Abaana bonna baali basuubirwa okwenyigira mu kulonda." }, { "english": "He resides in that university.", "luganda": "Abeera mu Yunivasite eyo." }, { "english": "Only registered students are allowed to go to the university hospital.", "luganda": "Abayizi abeewandiisa bokka be bakkirizibwa okugenda mu ddwaliro lya yunivaasite." }, { "english": "He was given a ten percent interest on his loan.", "luganda": "Yaweebwa amagoba ga bitundu kkumi ku buli kikumi ku ssente ze yawola." }, { "english": "He borrowed some money from his neighbor.", "luganda": "Ssente ezimu yazeewola ku muliraanwa we." }, { "english": "There was no way of avoiding the consequences of her dishonesty.", "luganda": "Tewaaliiwo ngeri yonna ya kwewalamu byandivudde mu butaba mwesigwa." }, { "english": "He built an apartment building in a road reserve.", "luganda": "Ennyumba yagizimba ku kibangirizi ky'ekkubo." }, { "english": "The family has been compensated with seven million dollars for their losses.", "luganda": "Amaka ago galiyiriddwa obukadde musanvu obwa ddoola olw'ebyo bye baafiirwa." }, { "english": "She scored the highest mark in the examination.", "luganda": "Ye yasinga okukola obulungi mu bigezo." }, { "english": "The results for the previous semester were released today morning.", "luganda": "Ebyava mu bigezo mu kusoma okwayita bifulumiziddwa leero ku makya." }, { "english": "Social studies was the worst done subject in the class last year.", "luganda": "Essomo erikwata ku mbeera z'abantu lye lyasinga okukolebwa obubi omwaka oguwedde." }, { "english": "That class has the highest number of students passing with excellent results this year.", "luganda": "Ekibiina ekyo kye kirimu abaana abasinga obungi abasinze okukola obulungi omwaka guno." }, { "english": "Her aunt is a professional accountant.", "luganda": "Ssenga we yasomerera gwa kubala bitabo." }, { "english": "He was among the soldiers sent to Somalia.", "luganda": "Y'omu ku basirikale abaatwalibwa e Somalia." }, { "english": "He organized a talk with his father to mend their relationship.", "luganda": "Yakola enteekateeka okwogera ne kitaawe basobole okuzzaawo enkolagana." }, { "english": "He broke the agreement they signed to regulate their competition.", "luganda": "Yamenya endagaano gye baassaako emikono okusobola okuba n'okuvuganya okulungi." }, { "english": "Her brother died in a motorcycle accident two years ago.", "luganda": "Mwannyina yafiira mu kabenje ka pikipiki emyaka ebiri egiyise." }, { "english": "The driver lost control and knocked two people walking on the road.", "luganda": "Omuvuzi yalemererwa n'atomera abantu babiri abaali batambulira ku kkubo." }, { "english": "He broke his leg in the accident.", "luganda": "Okugulu kwe kwamenyekera mu kabenje." }, { "english": "The five siblings shared ten million Uganda shillings among themselves.", "luganda": "Ab'oluganda abataano baagabana obukadde kkumi obw'ensimbi za Uganda." }, { "english": "Employees all over the country complained about the increase in the Value Added Tax.", "luganda": "Abakozi okwetooloola eggwanga lyonna beemmulugunya olw'omusolo gwa Vat ogwali gweyongedde okulinya." }, { "english": "The legislators demanded an investigation of the recent kidnappings.", "luganda": "Ababaka ba palamenti baasaba wabeewo okunoonyereza ku kiwamba bantu ekibaddewo." }, { "english": "She has a debt of ten thousand to pay back in two days.", "luganda": "Alina ebbanja lya mutwalo guno z'alina okusasulira mu nnaku bbiri." }, { "english": "The company sued the government over canceling its services for no proper reason.", "luganda": "Kampuni yakuba gavumenti mu mbuga z'amateeka olw'okusazaamu emirimu gyabwe awatali nsonga nnambulukufu." }, { "english": "The family's petition against their daughter's rapist was approved today.", "luganda": "Omusango gwe baawaabira eyasobya ku mwana waabwe gukkiriziddwa leero." }, { "english": "He had no protection for his crimes against the family.", "luganda": "Teyalina bukuumi bwonna olw'ebikolwa eby'obumenyi bw'amateeka bwe yatuusa ku b'omu maka ge." }, { "english": "There is a statue in the middle of the park.", "luganda": "Waliwo ekibumbe ky'omuntu wakati mu ppaaka." }, { "english": "They accepted to sponsor her education.", "luganda": "Baakkiriza okumusasulira ssente ez'okusoma." }, { "english": "He was gifted with a car.", "luganda": "Yaweebwa ekirabo kya mmotoka." }, { "english": "Hockey is not a popular sport in Uganda.", "luganda": "Omuzannyo gwa hockey tegumanyiddwa nnyo mu Uganda." }, { "english": "The school excluded her from sports activities because of her poor health.", "luganda": "Essomero lyamuggya ku mizannyo olw'embeera y'obulamu bwe etali nnungi." }, { "english": "He released his first movie in March.", "luganda": "Firimu ye esooka yagifumya mu Maaki." }, { "english": "The football coach discussed the importance of a united team.", "luganda": "Omutendesi w'omupiira ogw'ebigere yayogera ku bukulu bwa ttiimu okuba obumu." }, { "english": "My uncle retired from his office yesterday.", "luganda": "Kojjange yawummula emirimu gye olunaku lwa jjo." }, { "english": "He saved money to take him through his retirement days.", "luganda": "Yaterekawo ssente ez'okumuyamba mu bukadde bwe." }, { "english": "Some coffee types are grown in mountains.", "luganda": "Ebikka ebimu eby'emmwanyi birimibwa ku nsozi." }, { "english": "The friends talked about their failing friendship.", "luganda": "Ab'emikwano baayogera ku mukwano gwabwe okugenda gwonooneka." }, { "english": "The two political parties were at war with each other.", "luganda": "Ebibiina by'eby'obufuzi ebibiri bibadde ku mbiranye." }, { "english": "The volleyball team signed a contract to play for the country.", "luganda": "Ttiimu ya volleyball yakola endagaano okuzannyira eggwanga." }, { "english": "He named his company after his wife.", "luganda": "Kampuni yagibbulamu erinnya lya mukyala we." }, { "english": "He has no investment despite working for twenty years.", "luganda": "Talinawo kintu kyonna ky'ataddemu ssente wadde ng'amaze emyaka amakumi abiri ng'akola." }, { "english": "Her father threatened to beat her for refusing to do her house chores.", "luganda": "Kitaawe yamusuubiza okumukuba olw'okugaana okukola emirimu gy'awaka." }, { "english": "He was next in line to succeed in his father's position in the company.", "luganda": "Ye yali agenda okudda mu kifo kya kitaawe mu kampuni." }, { "english": "I am three months pregnant.", "luganda": "Ndi lubuto lwa myezi esatu." }, { "english": "The family didn't know how many buildings their father owned.", "luganda": "Abaana baali tebamanyi muwendo gw'ebizimbe kitaabwe bye yalina." }, { "english": "Her son stopped behaving badly.", "luganda": "Mutabani we yalekera awo okweyisa obubi." }, { "english": "The family suggested cooking little food to solve his overeating problem.", "luganda": "Ab'omu maka baaleeta ekiteeso nti bafumbenga emmere ntono kibayambe okugonjoola ekizibu kye eky'okulya ekisukkiridde." }, { "english": "No one can argue with the boss.", "luganda": "Tewali muntu n'omu ayinza kuwakanya mukama we." }, { "english": "The factory needs more labor.", "luganda": "Ekkolero lyetaaga okwongera ku bakozi." }, { "english": "Her brother is underpaid for the work he does.", "luganda": "Mwannyina tasasulwa bulungi ku mulimu gw'akola." }, { "english": "Kenya has the best railway system in East Africa.", "luganda": "Mu mawanga ga East Afirica Kenya y'erina ekkubo ly'egaali y'omukka erisinga obulungi." }, { "english": "The workers complained about a poor working environment.", "luganda": "Abakozi beemmulugunya olw'embeera embi gye bakoleramu." }, { "english": "She was defeated in the dance competition.", "luganda": "Yawangulwa mu mpaka z'amazina." }, { "english": "The workmates respected each other.", "luganda": "Abakozi baali bassingaanamu ekitiibwa." }, { "english": "She joined the army last Monday.", "luganda": "Yayingira amaggye ku Bbalaza ewedde." }, { "english": "The company has hired a new secretary.", "luganda": "Kampuni effunye omuwandiisi omupya." }, { "english": "She went to the army base in Somalia to report about their leader's retirement.", "luganda": "Yagenda ku kitebe ky'amaggye e Somalia okuwa alipoota ekwata ku kuwummula kw'omukulembeze waabwe." }, { "english": "The director ordered the supervisor to make a budget for the field trip.", "luganda": "Dayirekita yalagira nnampala okukola embalirira ekwata ku lugendo lwabwe." }, { "english": "The family considered themselves a middle-income family.", "luganda": "Ab'omu maka baali beetwala okuba ab'enfuna mpola." }, { "english": "He hasn't produced a report for his final year project.", "luganda": "Tannawaayo alipoota esembayo ekwata ku pulojekiti ye." }, { "english": "The opposing team won the debate.", "luganda": "Abaali ku ludda oluvuganya be baawangula empaka ez'okukubaganya ebirowoozo." }, { "english": "His farm was infested with rats.", "luganda": "Faamu ye yalimu emmese nnyingi." }, { "english": "Bacteria can develop a resistance against some treatments.", "luganda": "Endwadde ziyinza okulwanyisa obujjanjabi obumu." }, { "english": "Our neighbors are Muslims.", "luganda": "Baliraanwa baffe basiraamu." }, { "english": "The students damaged the windows of the college during the riot.", "luganda": "Abayizi baayasa amaddirisa g'esomero bwe baali beekalakaasa." }, { "english": "A Sheikh teaches Islam to fellow Muslims.", "luganda": "Seeka ayigiriza basiraamu banne obusiraamu." }, { "english": "The national netball competitions start today.", "luganda": "Empaka z'eggwanga ez'omupiira ogw'okubaka zitandika leero." }, { "english": "The rugby coach doesn't stay in the school.", "luganda": "Omutendesi wa rugby tabeera ku ssomero." }, { "english": "He arrived early for the event.", "luganda": "Yatuuka bukyali ku mukolo." }, { "english": "The family funded the investigations of their child's kidnapping.", "luganda": "Ab'engaanda baawaayo ssente ez'okunoonyereza ku kuwambibwa kw'omwana waabwe." }, { "english": "His parents demanded an investigation into his murder case.", "luganda": "Bazadde be baasaba wabeewo okunoonyereza ku musango gwe ogw'ettemu." }, { "english": "She helped her sister with her homework.", "luganda": "Yayambako muganda we okukola ebyamuweebwa ku ssomero okukolera awaka." }, { "english": "He was the youngest player on the volleyball team.", "luganda": "Ye yali omuzannyi asingayo obuto mu ttiimu ya volleyball." }, { "english": "Few countries in Africa have reached middle-income status.", "luganda": "Mawanga matono mu Afirica agasuumusse ne gatuuka mu lusse lw'amawanga agali yaddeyaddeko." }, { "english": "Her mother recovered from breast cancer.", "luganda": "Nnyina yawona ekirwadde kya kookolo w'amabeere." }, { "english": "He is a Christian.", "luganda": "Mukristaayo." }, { "english": "The queen ordered the execution of the two thieves.", "luganda": "Kwiini yalagira okuttibwa k'ababbi ababiri." }, { "english": "Western Uganda has many tourist sites.", "luganda": "Mu bugwanjuba bwa Uganda eriyo ebifo bingi eby'obulambuzi." }, { "english": "The clergy condemned the act of false miracles.", "luganda": "Omukulembeze w'eddiini yavvumirira eby'amagero eby'obulimba." }, { "english": "The students wanted to know who had ordered them to stay in their dormitories.", "luganda": "Abayizi baali baagala kumanya eyali abalagidde okusigala mu bisulo byabwe." }, { "english": "He is the new ambassador to China.", "luganda": "Ye mubaka omupya mu China." }, { "english": "She told her brother to mind his business.", "luganda": "Yagamba mwannyina affe ku bimukwatako." }, { "english": "The organization donated clothes to children in that foster home.", "luganda": "Ekibiina kyawa engoye abaana b'omu maka ago agalabirira abaana." }, { "english": "Currently most people in Uganda have mobile phones.", "luganda": "Mu kiseera kino abantu abasinga obungi mu Uganda balina amasimu ag'omu ngalo." }, { "english": "His whole family died in a house fire.", "luganda": "Ab'omu maka ge bonna baafiira mu muliro ogwayokya ennyumba." }, { "english": "Theft is on the rise in Kampala.", "luganda": "Obubbi bugenda bweyongera mu Kampala." }, { "english": "The police is still investigating the minister's murder.", "luganda": "Poliisi ekyanoonyereza ebikwata ku kutemulwa kwa minisita." }, { "english": "There are more male employees in that company than females.", "luganda": "Mu kampuni eyo mulimu abakozi abasajja bangi okusinga abakazi." }, { "english": "Every political party has its own unique set of rules.", "luganda": "Buli kibiina ky'eby'obufuzi kirina amateeka gaakyo ag'enjawulo." }, { "english": "This football team is one of the best this season.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira eno y'emu ku zisinga obulungi mu sizoni eno." }, { "english": "He was one of the world's greatest footballers.", "luganda": "Yali omu ku bazannyi b'omupiira abaali basingayo obulungi mu nsi yonna." }, { "english": "Our swimming coach was impressed with my performance.", "luganda": "Omutendesi waffe ow'okuwuga yasanyukira nnyo engeri gye nnakolamu." }, { "english": "Schools should emphasize a balance between academics and sports.", "luganda": "Amasomero gasaanidde obutagwa lubege ku bikwata ku by'enjigiriza n'eby'emizannyo." }, { "english": "The government banned the sale of dangerous drugs.", "luganda": "Gavumenti yawera okutunda eddagala ery'omutawaana." }, { "english": "So many people in this area will be displaced by their landlord tomorrow.", "luganda": "Abantu bangi nnyo mu kitundu kino enkya bajja kusengulwa bannanyini ttaka." }, { "english": "The groundbreaking ceremony will take place at our king's palace", "luganda": "Omukolo ogw'okutongoza gujja kuba mu lubiri lwa kabaka waffe." }, { "english": "Country leaders should always have the citizens' best interests at heart.", "luganda": "Abakulembeze mu ggwanga balina okufaayo ennyo ku ebyo abantu bye baagala." }, { "english": "She is the wife of one of the presidential candidates.", "luganda": "Ye mukyala w'omu ku abo abeesimbyewo okuvuganya mu kifo ky'obwa pulezidenti." }, { "english": "The new year begins tomorrow.", "luganda": "Omwaka omugya gutandika nkya." }, { "english": "He legally changed his name when he turned twenty years.", "luganda": "Yayita mu mateeka okukyusa erinnya lye bwe yaweza emyaka egy'obukulu amakumi abiri." }, { "english": "Each minister was asked to deliver a report during the meeting.", "luganda": "Buli minisita yasabibwa okuwa alipoota mu lukungaana." }, { "english": "Her daughter has been missing for more than a week.", "luganda": "Muwala we tabaddewo okumala ebbanga erisukka mu wiiki." }, { "english": "No cars were allowed into the city beyond three o'clock in the afternoon.", "luganda": "Tewali mmotoka eyali ekkirizibwa mu kibuga okusukka esaawa mwenda ez'olweggulo." }, { "english": "He survived a plane crash that killed fifty people.", "luganda": "Yawona akabenje k'ennyonyi akatta abantu amakumi attaano." }, { "english": "Three candidates are competing for the highest position in the company.", "luganda": "Abantu basatu beesimbyewo okuvuganya ku kifo ekisingayo okuba ekya waggulu mu kampuni." }, { "english": "We go to school to acquire knowledge.", "luganda": "Tusoma tusoble okufuna amagezi." }, { "english": "They are the best live band in the city.", "luganda": "Be bakubi b'endongo abasingayo obulungi mu kibuga." }, { "english": "The concert was a huge success.", "luganda": "Konsati yagenda bulungi nnyo" }, { "english": "There are many restaurants in our town.", "luganda": "Mu kibuga mulimu ebirabo by'emmere bingi." }, { "english": "The government has embarked on relieving the economy by opening some sectors.", "luganda": "Gavumenti etandise okuleeta obuweerero ku by'enfuna by'eggwanga ng'eggulawo ebitongole ebimu." }, { "english": "It is unlawful to litter in public.", "luganda": "Kimenya amateeka okumala gasuula kasasiro mu bantu." }, { "english": "The minister said most vendors prefer to sell by the roadside than in arcades.", "luganda": "Minisita yagambye nti abasuubuzi abasinga obungi baagala kutundira ku mmabbali g'enguudo okusinga okubeera mu zi akeedi." }, { "english": "Fishermen were cautioned against the high number of crocodiles in that lake.", "luganda": "Abavubi baalabuddwa nti mu nnyanja eyo mulimu ggoonya mungi." }, { "english": "He said every country is now trying to manufacture its coronavirus vaccine.", "luganda": "Yagamba nti buli ggwanga kati ligezaako okwekolera eddagala erigema ekirwadde kya korona." }, { "english": "The number of Ebola cases in the country has increased.", "luganda": "Abantu abakwatibwa ekirwadde kya Ebola mu ggwanga beeyongedde obungi." }, { "english": "Sometimes the lines in the banking halls are very long.", "luganda": "Oluusi ennyiriri ziba mpanvu mu bbanka." }, { "english": "The teams drew one to one in the final match.", "luganda": "Ttiimu zaasibagana goolo emu ku emu mu muzannyo ogw'akamalirizo." }, { "english": "He broke many high jump records in the Olympics.", "luganda": "Yamenya likodda nnyingi ez'okubuuka mu mizannyo gya Olimpiki." }, { "english": "He scored the first goal in the football match.", "luganda": "Yateeba goolo eyasooka mu muzannyo gw'omupiira." }, { "english": "The school receives visitors every week.", "luganda": "Essomero lifuna abagenyi buli wiiki." }, { "english": "She lost the elections in her hometown.", "luganda": "Yawangulwa mu kalulu mu tawuni y'ewaabwe." }, { "english": "The number of coronavirus cases in the country is worrying.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu abakwatiddwa ekirwadde kya korona mu ggwanga gweraliikiriza." }, { "english": "China has a large population of people.", "luganda": "China erimu abantu bangi nnyo." }, { "english": "The long-awaited football match is finally here.", "luganda": "Empaka z'omupiira ezibadde zirindirirwa okumala ebbanga eddene zituuse." }, { "english": "The European Union has twenty seven member states.", "luganda": "Omukago gwa Bulaaya gulimu ensi amakumi abiri mu musanvu." }, { "english": "The prime minister said the government is doing all in its power to stop human trafficking.", "luganda": "Ssabaminisita yagambye nti gavumenti ekola kyonna ekisoboka okukomya okukusibwa kw'abantu." }, { "english": "These pictures were taken in different parts of the world.", "luganda": "Ebifaananyi bino byakubibwa okuva mu bitundu ebitali bimu mu nsi." }, { "english": "He said that the plan to reopen schools is still under debate.", "luganda": "Yagambye nti enteekateeka ez'okuggulawo amasomero zikyakubaganyizibwaako ebirowoozo." }, { "english": "It has been a while since the last national population census was carried out.", "luganda": "Ebbanga liyiseewo okubala abantu bukya kubaawo." }, { "english": "Many of my classmates would like to study in Greece.", "luganda": "Bangi ku abo be nsoma nabo mu kibiina kye kimu bandyagadde okusomera mu Buyonaani." }, { "english": "The president and prime minister will be attending the function tomorrow.", "luganda": "Pulezidenti ne ssabaminisita bajja kubaawo ku mukolo enkya." }, { "english": "The football season has just started.", "luganda": "Sizoni y'omupiira yakatandika." }, { "english": "Government should assist farmers in rural areas.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okuwa abalimi obuyambi mu bitundu eby'omu byalo." }, { "english": "He is a respectable man in the community.", "luganda": "Omusajja oyo assibwamu ekitiibwa mu kitundu." }, { "english": "She described his death as unexpected.", "luganda": "Yagamba nti okufa kwe kwali tekusuubirwa." }, { "english": "Many organizations have come up to help the victims of war.", "luganda": "Ebibiina bingi bivuddeyo okuyamba abo abaakosebwa entalo." }, { "english": "People without company identification cards were not allowed to enter the building.", "luganda": "Abantu abataalina kaadi ya kampuni tebaakkirizibwa kuyingira mu kizimbe." }, { "english": "Arua hosts a large number of employees from South Sudan.", "luganda": "Mu Arua mulimu abakozi bangi nnyo okuva mu Sudan ow'Amaserengeta." }, { "english": "There are many refugees in Uganda.", "luganda": "Mu Uganda mulimu abanoonyi b'obubudamo bangi." }, { "english": "There are many interesting articles in today's newspaper.", "luganda": "Mu mawulire ga leero ag'empapula mulimu ebitundu bingi ebinyuma." }, { "english": "All political parties should put the citizens' interests first.", "luganda": "Ebibiina by'obufuzi byonna bisaanidde okukulembeza ebyo abantu bye baagala." }, { "english": "He commended the president for maintaining peace within the country.", "luganda": "Yeebaza pulezidenti olw'okukuuma emirembe mu ggwanga." }, { "english": "We should always pray for good health.", "luganda": "Bulijjo tusaanidde okusabirira obulamu obulungi." }, { "english": "All countries are doing their best to prevent the further spread of the disease.", "luganda": "Ensi zonna zikola ekisoboka kyonna okulaba nti ekirwadde tekyeyongera kusaasana." }, { "english": "The university has put up new rules for international students.", "luganda": "Yunivasite etaddewo amateeka amapya agakwata ku bayizi abava mu nsi endala." }, { "english": "Every person should wear a face mask while in a public place.", "luganda": "Buli muntu asaanidde okwambala masiki ng'ali mu bifo eby'olukale." }, { "english": "The manager said it's not easy to manage company resources.", "luganda": "Manejja yagambye nti si kyangu kulabirira bintu bya kampuni." }, { "english": "He was satisfied by the excellent service at the restaurant.", "luganda": "Yali mu mumativu nnyo n'empeereza ennungi ey'omukirabo ky'emmere." }, { "english": "Girls should be encouraged to participate in sports at school.", "luganda": "Abawala basaanidde okukubirizibwa okwenyigira mu mizannyo ku ssomero." }, { "english": "The bishop cautioned the congregation against cheating in competitions.", "luganda": "Bisoopu yalabula ekibiina ky'abakkiriza ku bikwata ku kubba mu mpaka." }, { "english": "The headteacher directed all sick students to be sent home immediately.", "luganda": "Omukulu w'essomero yalagira abayizi abalwadde bonna bazzibweyo ekka embagirawo." }, { "english": "She said the country needs at least two national airports.", "luganda": "Yagamba nti eggwanga lyetaaga okuba waakiri n'ebisaawe bibiri eby'ennyonyi ebya gavumenti." }, { "english": "Many heads of state have arrived in the country to take part in the peace talks.", "luganda": "Abakulembeze b'amawanga bangi batuuse mu ggwanga okusobola okwenyigira mu ntesaganya ez'emirembe." }, { "english": "Some businesses increased their sales during the coronavirus pandemic.", "luganda": "Buzineensi ezimu zaatunda nnyo mu kiseera ky'ekirwadde kya korona." }, { "english": "Not everyone in the company was interested in participating in the elections.", "luganda": "Tekiri nti buli muntu yenna mu kampuni yali ayagala okwenyigira mu kulonda." }, { "english": "This road is too small to handle the ever-increasing traffic.", "luganda": "Lino ekkubo funda nnyo era teriyinza kukozesebwa mmotoka zino zonna ezeeyongera obungi." }, { "english": "All groups of people should have fair representation in parliament.", "luganda": "Abantu ab'engeri zonna balina okukiikirirwa mu palamenti." }, { "english": "Many farmers are complaining about the pests which are destroying their crops.", "luganda": "Abalimi bangi beemulugunya olw'ebiwuka ebyonoona ebirime byabwe." }, { "english": "The Ugandan currency is depreciating.", "luganda": "Ssente za Uganda zigenda zinaabuuka." }, { "english": "She learned to be patient while staying with her children during the lockdown.", "luganda": "Yayiga okuba omukwata mpola bwe yabeera awamu n'abaana be mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "The minister advised all sick people to seek immediate medical attention.", "luganda": "Minisita yawa abalwadde bonna amagezi okufuna mangu obujjanjabi." }, { "english": "This city is known for having the best hotels.", "luganda": "Kimanyiddwa nti ekibuga kino kirimu wooteri ezisingayo obulungi." }, { "english": "Each debate team had to score at least six points to qualify for the next round.", "luganda": "Buli ttiimu y'aboogezi yalina okufuna obubonero nga mukaaga okusobola okusumusibwa ku mutendera omulala." }, { "english": "He said hard work is the key to maintaining the top position in the mathematics competition.", "luganda": "Yagamba nti kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okusigala mu kifo ekya waggulu mu mpaka z'essomo ly'okubala." }, { "english": "We have one of the best national cricket teams in the country.", "luganda": "Ttiimu yaffe eya cricket y'emu ku ezo ezisingayo obulungi mu ggwanga." }, { "english": "The football coach told the journalists that he was pleased with the performance of his players.", "luganda": "Omutendesi w'omupiira yagamba bannamawulire nti yali musanyufu olw'omutindo gw'abazannyi be." }, { "english": "All academic institutions in Uganda were closed for three months to curb the spread of the virus.", "luganda": "Amasomero gonna mu Uganda gaaggalwawo okumala emyezi essatu okusobola okutangira okusaasana kw'ekirwadde." }, { "english": "Malaria is one of the commonest diseases on the continent.", "luganda": "Omusujja gw'ensiri gwe gumu ku ndwadde ezisinga okutawanya abantu mu ssemazinga waffe." }, { "english": "He began playing football at six years of age.", "luganda": "Yatandika okuzannya omupiira ng'aweza emyaka mukaaga eg'obukulu." }, { "english": "He is the head of the Muslim association in this district.", "luganda": "Ye mukulembeze w'ekibiina ky'abasiraamu mu disitulikiti eno." }, { "english": "Many businesses had to close this year because of inadequate capital.", "luganda": "Bizineensi nnyingi zaalina okuggalawo omwaka guno olw'obutaba na ssente zimala ez'okukola." }, { "english": "Many people lost their jobs because of the pandemic.", "luganda": "Abantu bangi baafiirwa emirimu gyabwe olw'ekirwadde." }, { "english": "The doctor said carrying out a coronavirus test is the only way to be sure if you are not infected.", "luganda": "Omusawo yagamba nti engeri yokka ey'okukikakasaamu nti tolina kirwadde kya korona kwe kwekebeza." }, { "english": "The organization was shut down because it was allegedly carrying out illegal operations.", "luganda": "Ekibiina kyaggalwawo olw'okuba kyali kiteeberezebwa okuba nga kikola emirimu mu ngeri emenya amateeka." }, { "english": "Her favorite sport is basketball.", "luganda": "Asinga kwagala muzannyo gw'omupiira gw'ensero." }, { "english": "She was allegedly left unattended to by the nurse for over four hours.", "luganda": "Kigambibwa nti abasawo tebaamufaako okumala essaawa ezisukka mu nnya." }, { "english": "There are many companies manufacturing masks in the country.", "luganda": "Waliwo kampuni nnyingi ezikola masiki mu ggwanga." }, { "english": "He dedicated his latest song to his father.", "luganda": "Oluyimba lwe yasembayo okufulumya yaluwaayo eri kitaawe." }, { "english": "She said little children require lots of attention.", "luganda": "Yagamba nti abaana abato beetaaga okufiibwako ennyo." }, { "english": "Only one passenger died when the bus collided with a truck.", "luganda": "Omusabaze omu yekka ye yafa baasi bwe yatomeragana ne loole." }, { "english": "They were arrested for operating without a valid license.", "luganda": "Baakwatibwa olw'okukola emirimu nga tebalina lisensi." }, { "english": "The tourists climbed to the peak of the mountain.", "luganda": "Omulambuzi yalinya n'atuuka ku ntikko y'olusozi." }, { "english": "The president of Uganda restricted movement into and across districts to curb the spread of the virus.", "luganda": "Pulezidenti wa Uganda yakugira abantu okutambula okuva mu disitulikiti emu okudda mu ndala okusobola okutangira okusaasana kw'ekirwadde." }, { "english": "She gave birth to a baby boy.", "luganda": "Yazaala mwana mulenzi." }, { "english": "The pastor invites people to pray at his home every Friday.", "luganda": "Pasita ayita abantu okusabira ewuwe ku buli Lwakutaano." }, { "english": "The residents complained about the small parking yard at the supermarket.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu beemulugunya olw'okuba awasimba ebidduka ku ssemaduuka wafunda nnyo" }, { "english": "People spend a lot of money during the festive season.", "luganda": "Abantu basaasanya ssente nnyingi nnyo mu biseera eby'ennaku enkulu." }, { "english": "The organization is raising funds to help the elderly.", "luganda": "Ekibiina kisonda ssente ez'okuyamba bannamukadde." }, { "english": "The market vendors told people to wash their hands before entering the market.", "luganda": "Abasuubuzi mu katale baagamba abantu okunaaba mu ngalo nga tebannayingira mu katale." }, { "english": "Her pictures spread on social media like wildfire.", "luganda": "Ebifaananyi bye bibadde biyitangana ku mikuttu emigattabantu." }, { "english": "The doctor told her to eat more vegetables than meat.", "luganda": "Omusawo yamugamba okusinga okulya enva endiirwa mu kifo ky'ennyama." }, { "english": "His loan request was rejected by the bank.", "luganda": "Bbanka yagaana okumuwola ssente." }, { "english": "He was operating a bar without a license.", "luganda": "Yali akola mulimu gwa kutunda bbaala naye nga talina layisensi." }, { "english": "The seedlings are ready to be transferred to the garden.", "luganda": "Ebimera ebyo bituuse okusimbuliza." }, { "english": "He gave us an invitation a day to the wedding.", "luganda": "Yatuwa kaadi etuyita ng'ebulayo olunaku lumu embaga etuuke." }, { "english": "The leader banned imported goods.", "luganda": "Omukulembeze yawera eby'amaguzi ebiva ebweru w'eggwanga." }, { "english": "Bars are still closed because of coronavirus.", "luganda": "Ebbaala zikyali nziggale olw'ekirwadde kya korona." }, { "english": "The children were punished for disobeying their father.", "luganda": "Abaana baabonerezebwa olw'okujeemera kitaabwe." }, { "english": "He requested them to refund his money.", "luganda": "Yabasaba bamuddize ssente ze." }, { "english": "The students are excited about the new classroom block.", "luganda": "Abaana basanyufu nnyo olw'ekizimbe ekipya eky'okusomeramu." }, { "english": "Her hair started breaking when she started dieting.", "luganda": "Bwe yatandika okulya obulungi enviiri ze zaatandika okukutukakutuka." }, { "english": "Soccer is his favorite game.", "luganda": "Omuzannyo gw'omupiira gw'asinga okwagala." }, { "english": "She plants vegetables in her backyard.", "luganda": "Asimba enva endiirwa emmanju." }, { "english": "Their family depends entirely on agriculture.", "luganda": "Ab'omu maka ge beesigamye ku bulimi na ku bulunzi bwokka." }, { "english": "Most youths in rural areas have given up on education.", "luganda": "Abavubuka abasinga obungi mu byalo eby'okusoma babivuddeko." }, { "english": "The landlord collects rent at the end of every month.", "luganda": "Nnanyini nnyumba akungaanya ssente z'obupangisa ku buli nkomerero y'omwezi." }, { "english": "The sanitary prefect advised her fellow students to wash their hands after using the toilet.", "luganda": "Pulifekiti avunaanyizibwa ku by'obuyonjo ku ssomero yakubiriza bayizi banne okunaaba mu ngalo nga bavudde mu kabuyonjo." }, { "english": "The truck driver tested positive for coronavirus while at the border.", "luganda": "Omuvuzi wa loole baamukeberera ku nsalo ne bamuzuulamu ekirwadde kya korona." }, { "english": "Everyone was shocked by the sudden death of the priest.", "luganda": "Buli omu yakubwa enkyukwe olw'omusosodooti okufa embulaga." }, { "english": "Our mother always encouraged us to pray every day.", "luganda": "Maama waffe yatukubirizanga okusabanga buli lunaku." }, { "english": "The nursery bed was put under a tree to avoid direct sunlight.", "luganda": "Nasale y'ebimera yateekebwa wansi w'omuti ebimera bireme kutuukibwako kasana butereevu." }, { "english": "The elections were free and fair.", "luganda": "Okulonda kwali kwa mazima na bwenkanya." }, { "english": "All the primary five students participated in the singing competition.", "luganda": "Abayizi bonna ab'ekibiina eky'okutaano beenyigira mu mpaka z'okuyimba." }, { "english": "The beach is crowded on weekends.", "luganda": "Olubalama lw'ennyanja lubaamu abantu bangi ku wiikendi." }, { "english": "My uncle could not wait to get off the plane and see his family.", "luganda": "Kojja yali yesunga nnyo okuva mu nnyonyi asobole okulaba ab'omu maka ge." }, { "english": "He lost his money in sports betting.", "luganda": "Yafiirwa ssente mu zaala w'eby'emizannyo." }, { "english": "The match was canceled due to bad weather.", "luganda": "Omupiira gwasazibwamu olw'embeera y'obudde embi." }, { "english": "Doctors encouraged us to eat fruits to boost our immunity.", "luganda": "Abasawo baatukubiriza okulya ebibala omubiri gusobole okuba n'amaanyi agalwanyisa obulwadde." }, { "english": "He scored five goals during the match.", "luganda": "Yateeba goolo ttaano mu muzannyo." }, { "english": "The leader has many bodyguards.", "luganda": "Omukulembeze alina abakuumi bangi." }, { "english": "I last talked to her three months ago.", "luganda": "Nnasembayo okwogera naye emyezi esatu egiyise." }, { "english": "They donated food to the orphanage.", "luganda": "Baawaayo emmere eri amaka agakuuma bamulekwa." }, { "english": "He wrote a list of people that were involved in the fraud.", "luganda": "Yawandiika olukalala lw'abantu abaali beenyigidde mu bukumpanya." }, { "english": "The factory was destroyed during the fight with the rebels.", "luganda": "Ekkolero lyasanyizibwawo mu kulwanagana okwaliwo n'abayeekera." }, { "english": "The demonstrators ran off when they saw the police.", "luganda": "Abeekalakaasi badduka bwe baalaba poliisi." }, { "english": "The army attacked and killed the rebels last night.", "luganda": "Ekiro ekiyise amagye gaalumbye abayeekera ne gabatta." }, { "english": "She refused to cover her face scars with makeup.", "luganda": "Yagaana okwekolako asobole okukweka enkovu ezimuli ku feesi." }, { "english": "Children get career guidance from parents and teachers.", "luganda": "Abazadde n'abasomesa bayamba abaana okumanya bye balina okusoma." }, { "english": "The bridge fell due to heavy floods.", "luganda": "Olutindo lwagwa olw'amataba okuba amangi." }, { "english": "The school offered to clean the church after the Sunday service.", "luganda": "Essomero lyewaayo okulongoosa mu kkanisa oluvannyuma lw'okusaba kw'oku Ssande." }, { "english": "He is a talented basket ballplayer.", "luganda": "Alina ekitone mu kuzannya omupiira gw'ensero." }, { "english": "He recited the rosary while waiting for the bus.", "luganda": "Yali asoma sapule nga bw'alinda baasi." }, { "english": "Coronavirus has killed so many people in the world.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kisse abantu bangi nnyo mu nsi." }, { "english": "The leader encouraged parents to take children for immunization", "luganda": "Omukulembeze yakubiriza abazadde okutwala abaana baabwe bagemebwe." }, { "english": "He seemed to be upset during his singing performance.", "luganda": "Yalabika ng'omunakuwavu bwe yali ayimba." }, { "english": "He trained his children to play the piano during the lockdown.", "luganda": "Yayigiriza abaana be okukuba ennanga mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "She was crowned the winner of the international beauty pageant last year.", "luganda": "Yattikirwa engule olw'okuwangula empaka za bannalulungi omwaka oguwedde." }, { "english": "They sang the national anthem before the game began.", "luganda": "Baayimba oluyimba lw'eggwanga ng'omuzannyo tegunnatandika." }, { "english": "Manchester United has very many fans in Uganda.", "luganda": "Aba ttiimu y'omupiira eya Manchester United balina abawagizi bangi mu Uganda." }, { "english": "He was sued for child neglect.", "luganda": "Yawaawaabirwa olw'okulagajalira omwana." }, { "english": "The birthday party was held at her hostel.", "luganda": "Omukolo ogw'okukuza amazaalibwa gwali mu wooteri ye." }, { "english": "The goalkeeper saved them from losing the match.", "luganda": "Omukwasi wa goolo yabawonya okuwangulibwa mu mupiira ogwo." }, { "english": "They scored four goals at the beginning of the game.", "luganda": "Baateeba goolo nnya ku ntandikwa y'omuzannyo." }, { "english": "The university is researching coronavirus.", "luganda": "Yunivasite ennoonyereza ku kirwadde kya korona." }, { "english": "Some people are afraid of participating in general elections.", "luganda": "Abantu bangi batya okwenyigira mu kulonda kwa bonna." }, { "english": "They received funding for building a hospital.", "luganda": "Baafuna obuyambi bw'ensimbi okusobola okuzimba eddwaliro." }, { "english": "His family was quarantined upon arrival at the airport.", "luganda": "Ab'omu maka ge bwe baatuuka ku kisaawe ky'ennyonyi baatekebwa mu karantini." }, { "english": "Some people use various social media platforms to connect with others across the world.", "luganda": "Abantu abamu bakozesa emikutu emigattabantu egitali gimu okusobola okufuna enkolagana n'abantu abalala okwetooloola ensi yonna." }, { "english": "He submitted an incident report yesterday.", "luganda": "Olunaku lwa jjo yawaayo alipoota ekwata ku ebyo ebyaliwo." }, { "english": "He enjoys eating hot food.", "luganda": "Ayagala nnyo okulya emmere eyokya." }, { "english": "He was given a demand notice because he had not paid rent for six months.", "luganda": "Yaweebwa ekiwandiiko ekimubanja olw'okuba yali amaze emyezi mukaaga nga tasasula ssente za bupangisa." }, { "english": "They could not get married due to their religious differences.", "luganda": "Tebaasobola kufumbiriganwa olw'enjawukana mu ddiini." }, { "english": "My son was suspended from school for fighting.", "luganda": "Mutabani wange yagobebwa ku ssomero olw'okulwana." }, { "english": "Power has gone off in our region.", "luganda": "Amasanyalaze gavuddeko mu kitundu kyaffe." }, { "english": "He was stranded at the border for over one week.", "luganda": "Yali ku nsalo nga tamanyi wa kulaga okumala ebbanga lya wiiki emu." }, { "english": "Her daughter was abducted for political reasons.", "luganda": "Muwala we yawambibwa olw'ensonga ezeekuusa ku by'obufuzi." }, { "english": "Tourism generates income for the country.", "luganda": "Eby'obulambuzi bireeta ssente mu ggwanga." }, { "english": "The judge excused herself from the case because the accused is her niece.", "luganda": "Omulamuzi yava mu musango ogwo olw'okuba omuwaawabirwa muwala wa muganda we." }, { "english": "Some politicians are good at making empty promises.", "luganda": "Bannabyabufuzi abamu bamanyi okusuubiza empewo." }, { "english": "We use disinfectant to clean the baby's play mat.", "luganda": "Tukozesa eddagala eritta obuwuka okuyonja ekiwempe omwana w'azannyira." }, { "english": "Change is part of life.", "luganda": "Enkyukakyuka kitundu kya bulamu." }, { "english": "Everyone was shocked when they heard the news.", "luganda": "Abantu bonna beekanga bwe baawulira amawulire ago." }, { "english": "The youths refused to participate in the elections.", "luganda": "Abavubuka baagaana okwenyigira mu kulonda." }, { "english": "She is fond of giving excuses.", "luganda": "Yeekwasakwasa nnyo." }, { "english": "The shopkeeper knows the stock and price of every commodity in the shop.", "luganda": "Omutunzi w'eduuka amanya ebintu ebiri mu dduuka lye n'emiwendo gyabyo." }, { "english": "The community leaders organize a festival every year.", "luganda": "Abakulembeze mu kitundu bakola embaga buli mwaka." }, { "english": "There was a lot of food and drinks at the party.", "luganda": "Ku kabaga kwaliko emmere nnyingi n'eby'okunywa." }, { "english": "His Rolex watch is very costly.", "luganda": "Essaawa ye ey'ekika kya Rolex eggula buwanana." }, { "english": "All employees deserve to take leave for at least one week.", "luganda": "Abakozi bonna basaanidde okufuna oluwummula waakiri okumala wiiki ng'emu." }, { "english": "His driving permit was taken because he was drinking while driving.", "luganda": "Baamugyako pameti ye ey'okuvuga emmotoka olw'okuba yali anywa omwenge nga bw'avuga." }, { "english": "Motorbikes should carry only one passenger.", "luganda": "Pikipiki zirina okutwala omusabaaze omu yekka." }, { "english": "There were many celebrities at the party.", "luganda": "Ku kabaga kwaliko basirebbu bangi." }, { "english": "They received a grant to build a daycare.", "luganda": "Baafuna obuyambi okusobola okuzimba ekifo awakuumirwa abaana emisana." }, { "english": "His car is always clean.", "luganda": "Emmotoka ye buli kiseera ebeera nnyonjo." }, { "english": "People in Uganda love football.", "luganda": "Bannayuganda baagala nnyo omupiira." }, { "english": "He is now an international football player.", "luganda": "Kati muzannyi wa mupiira ow'ensi yonna." }, { "english": "His team won the champions league last year.", "luganda": "Ttiimu ye yawangula liigi ya bannantammegwa omwaka oguwedde." }, { "english": "Uganda Cranes has more points after scoring two goals.", "luganda": "Ttiimu ya Uganda Cranes erina obubonero bungi oluvannyuma lw'okuteeba goolo bbiri." }, { "english": "The school was closed because it did not meet the required standards.", "luganda": "Essomero lyaggalwawo kubanga lyali terituukiriza mutindo gwetaagisa." }, { "english": "He poured cold water into the radiator to cool the engine.", "luganda": "Yafuka amazzi aganyogoga mu leediyeta yingini esobole okuwola." }, { "english": "We have to look at the original copy of the certificate.", "luganda": "Tulina okulaba kopi za satifikeeti entuufu." }, { "english": "I play football during my free time.", "luganda": "Mu biseera byange eby'eddembe nzannya mupiira." }, { "english": "He hasn't yet paid the taxes for his real estate business.", "luganda": "Bizineensi ye ey'obwa bbulooka bw'amayumba n'ettaka tannagisasulira misolo." }, { "english": "The final election results will be announced on Friday.", "luganda": "Eby'enkomeredde ebyava mu kolonda bijja kulangirirwa ku Lwakutaano." }, { "english": "She was the shortest girl in our class.", "luganda": "Ye muwala eyali asingayo obumpi mu kibiina kyaffe." }, { "english": "He has to use a wheelchair for his whole life due to the damage to his spinal cord.", "luganda": "Alina okukozesa akagaali k'abalema obulamu bwe bwonna olw'ebisago bye yafuna ku nkizi." }, { "english": "His political party won the elections.", "luganda": "Ekibiina kye eky'eby'obufuzi kyawangula okulonda." }, { "english": "The legislator presented the budget for the new financial year last week.", "luganda": "Wiiki ewedde munnamateeka yawaayo embalirira y'omwaka gw'eby'ensimbi omupya." }, { "english": "My father is a professor of law.", "luganda": "Kitange mukenkufu mu by'amateeka." }, { "english": "The football team struggled to score a goal in the second half.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira yafuba nnyo okuteeba goolo mu kitundu eky'okubiri." }, { "english": "That basketball team has been the winner of the championship for four years.", "luganda": "Ttiimu eyo ey'omupiira gw'ensero y'ebadde ewangula eza bannantammegwa okumala emyaka ena egiyise." }, { "english": "The ministry of health reported two hundred new coronavirus cases today.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulamu kiwadde alipoota ya bantu abalala bibiri abazuuliddwamu ekirwadde kya korona leero." }, { "english": "She left the family home because she wanted to be independent.", "luganda": "Yaleka amaka gaabwe kubanga yali ayagala kwetongola." }, { "english": "The job applicants were required to submit their resumes and cover letter during the application process.", "luganda": "Abo abaawaayo okusaba kwabwe okw'omulimu kyali kibeetaagisa n'okubaako ebirala bye bawandiika ebiboogerako." }, { "english": "There was a debate about the introduction of taxes on internet usage in parliament.", "luganda": "Waaliwo okukubaganya ebirowoozo mu palamenti ku bikwata ku misolo emiggya egirina okuteekebwa ku nkozesa ya yintaneeti." }, { "english": "She resorted to doing business online following the closure of the arcades because of the pandemic.", "luganda": "Yasalawo okukolera bizineensi ku yintaneeti bwe baaggalawo zi akeedi olw'ekirwadde." }, { "english": "The picture shows who attended the debate on Wednesday.", "luganda": "Ekifaananyi kiraga abaaliwo mu kukubaganya ebirowoozo ku Lwokusatu." }, { "english": "The clinic misdiagnosed her with malaria.", "luganda": "Bwe baamukebera mu ddwaliro baagamba nti alina omusujja songa teyagulina." }, { "english": "My friend's family organized a fundraising drive to raise money for her liver operation.", "luganda": "Ab'omu maka ga mukwano gwange baakola enteekateeka ey'okumusondera ssente alongosebwe ekibumba." }, { "english": "That organization donated food to the community school.", "luganda": "Ekibiina ekyo kyawa essomero ly'omu kitundu emmere." }, { "english": "I was a waitress at a popular restaurant during my senior four vacation.", "luganda": "Nnali nkola ng'omuweereza mu kirabo ky'emmere ekimanyiddwa ennyo mu kiseera we nnabeerera mu luwummula lwa siniya ey'okuna." }, { "english": "He inspired her to take courageous steps in pursuing her career path.", "luganda": "Ye yamukubiriza okuba omumalirivu okuluubirira omulimu gwe." }, { "english": "The washing bay's customer base has increased this year.", "luganda": "Abantu abooleza awo emmotoka zaabwe beeyongedde obungi omwaka guno." }, { "english": "The company trains its new employees until they are familiar with the technology used.", "luganda": "Kampuni etendeka abakozi baayo abapya okutuusa nga bayize okukozesa obulungi tekinologiya akozesebwa." }, { "english": "Her cousin was suspended from school for two weeks.", "luganda": "Kizibwe we baamugoba ku ssomero okumala wiiki bbiri." }, { "english": "The police raided his home and arrested him for murdering his girlfriend.", "luganda": "Poliisi yazingako amaka ge era ne bamukwata nga bamulanga okutta muganzi we." }, { "english": "The coronavirus cases in Masaka have reduced because of the lockdown.", "luganda": "Omuwendo gw'bakwatibwa ekirwadde kya korona e Masaka gukendedde olw'omuggalo." }, { "english": "The two police officers severely beat the murder suspect.", "luganda": "Abapoliisi ababiri baakuba nnyo oyo eyali ateeberezebwa okuba omutemu." }, { "english": "My father is a dictator.", "luganda": "Kitange nnakyemalira." }, { "english": "He projected the pandemic to end in five years based on the present facts.", "luganda": "Yateebereza nti ekirwadde kijja kukoma mu myaka ettaano egijja okusinziira ku mbeera nga bw'eri kati." }, { "english": "The president appointed a female Vice President.", "luganda": "Pulezidenti yalonda omummyuka we omukazi." }, { "english": "The thief stabbed the man in the stomach five times.", "luganda": "Omubbi yafumita omusajja ekisso mu lubuto emirundi ettaano." }, { "english": "She is the first self-made millionaire from her family.", "luganda": "Y'asoose okweyita bifeekera mu maka gaabwe." }, { "english": "He wrote a report about the child's efforts to better his life.", "luganda": "Yawandiika alipoota ekwata ku ngeri omwana gy'afubamu okusobola okutereeza obulamu bwe." }, { "english": "She has a shop that sells charcoal.", "luganda": "Alina edduuka eritunda amanda." }, { "english": "She has three female pigs on her farm.", "luganda": "Alina embizzi enkazi ssatu mu faamu ye." }, { "english": "The procurement officer buys newspapers for the employees.", "luganda": "Oyo akola ogw'okugula ebintu bya kampuni agulira abakozi empapula z'amawulire." }, { "english": "That newspaper has reliable information.", "luganda": "Olupapula lw'amawulire olwo lubaamu amawulire ageesigika." }, { "english": "There is a newspaper vendor in Ntinda.", "luganda": "E Ntinda eriyo atunda amawulire." }, { "english": "The shortcut to town was blocked yesterday.", "luganda": "Ekkubo ery'okumpi erigenda mu tawuni lyaggaddwawo olunaku lwajjo." }, { "english": "The farming project was targeting Northern Uganda.", "luganda": "Pulojekiti eyo ey'okulunda ebadde eruubirira bantu b'omu Mambuka ga Uganda." }, { "english": "His brother developed an application for predicting crop yield.", "luganda": "Muganda we alina kye yayiiya ekyeyambisibwa mu kuteebereza engeri amakungula gye ganaabaamu." }, { "english": "The two siblings have a good relationship.", "luganda": "Ab'oluganda ababiri balina enkolagana ennungi." }, { "english": "She got copyrights for her song.", "luganda": "Yafuna ekiwandiiko ekikugira omuntu omulala okuyimba oluyimba lwe." }, { "english": "He was sentenced to death because he was a serial killer.", "luganda": "Yasalirwa ogw'okufa kubanga yali mutemu." }, { "english": "Her sister's body was cut into twenty pieces and placed in a polythene bag.", "luganda": "Omulambo gwa muganda we gwatemebwatemebwamu ebitundu amakumi abiri ne biteekebwa mu nsawo ey'akaveera." }, { "english": "The headmistress from her former school recommended her for the scholarship.", "luganda": "Omukyala akulira essomero gye yasomeranga yamuteereddewo akabega bamuwe sikaala." }, { "english": "The church service includes one hour for praise and worship.", "luganda": "Mu kusaba okubaawo mu kkanisa essaawa emu eba ya kuyimba n'okusinza." }, { "english": "The children are malnourished because of poor feeding.", "luganda": "Abaana bakonziba olw'endya embi." }, { "english": "The police sent officers to the village to investigate the old woman's murder.", "luganda": "Poliisi yaweereza abapoliisi baayo mu kyalo banoonyereze ku kuttibwa kwa mukazi mukulu." }, { "english": "He was arrested on suspicion of breaking into the company office.", "luganda": "Yakwatibwa olw'okuteeberezebwa nti yamenya n'ayingira mu ofiisi ya kampuni." }, { "english": "The district officer noted an increase in the number of coronavirus cases in the region.", "luganda": "Omukungu mu disitulikiti yakiraba nti waliwo okweyongerayongera mu muwendo gw'abo abakwatibwa ekirwadde kya korona mu kitundu." }, { "english": "Some motorcycle drivers don't wear face masks while carrying passengers.", "luganda": "Abavuzi ba pikipiki abamu tebambaala masiki nga basabaza abasaabaze." }, { "english": "Her nephew was accused of stealing the family land title.", "luganda": "Omwana wa muganda we yalumirizibwa okubba ekyappa ky'ettaka ly'amaka gaabwe." }, { "english": "She hasn't been to the field in three years.", "luganda": "Amaze emyaka essatu nga takola." }, { "english": "Fish farming is an upcoming popular business.", "luganda": "Bizineesi y'okulunda ebyennyanja etandise okwettanirwa." }, { "english": "The main function of the heart is to pump blood throughout the body.", "luganda": "Omulimu ogusinga obukulu ogukolebwa omutima kwe kutambuza omusaayi mu mubiri gwonna." }, { "english": "Their children aren't interested in any sports activities.", "luganda": "Abaana be tebaagala mizannyo egy'engeri yonna." }, { "english": "The rebels have attacked that village several times.", "luganda": "Abayeekera balumbye ekyalo ekyo enfunda nnyingi." }, { "english": "The government distributed face masks all over the country last year.", "luganda": "Omwaka oguwedde gavumenti yagaba masiki mu ggwanga lyonna." }, { "english": "The couple postponed their wedding meeting to twenty first July.", "luganda": "Abagenda okufumbiriganwa baayongezaayo olukungaana lw'embaga yaabwe okutuusa nga abiri mu lumu Kasambula." }, { "english": "The manager promised to increase each employee's salary.", "luganda": "Manejja yasuubiza okwongeza omusaala gwa buli mukozi." }, { "english": "The architect informed his client that construction would be over in two weeks.", "luganda": "Omuzimbi yagamba kasitoma we nti omulimu gw'okuzimba gujja kuggwa mu wiiki bbiri." }, { "english": "My parents extended my curfew to nine o'clock in the evening.", "luganda": "Bazadde bange baayongezaayo kafiyu wange okutuuka ku ssaawa ssatu ez'ekiro." }, { "english": "They negotiated for a five percent reduction in the price of the tent.", "luganda": "Baateesa omuwendo gwa weema gusalibweko ebitundu bitaano ku buli kikumi." }, { "english": "Lately the weather is unpredictable.", "luganda": "Ennaku zino sikyangu kuteebereza mbeera ya budde." }, { "english": "The wrestling match is scheduled for this Thursday.", "luganda": "Empaka z'ebiggwo zijja kubaawo ku Lwakuna luno." }, { "english": "After he escaped from prison he was on the run for two years.", "luganda": "Bwe yatoloka okuva mu kkomera yamala emyaka ebiri nga yeekwekerera." }, { "english": "His personal information was leaked to the public.", "luganda": "Ebimukwatako byategeezebwa abantu bonna" }, { "english": "The group organized a demonstration against the recent brutal killings of black people.", "luganda": "Baateekateeka okwekalakaasa olw'okuttirimbula abaddugavu okubaddewo gye buvuddeko awo." }, { "english": "She included half the class on the list of noisemakers.", "luganda": "Ekitundu kimu kyakubiri eky'ekibiina yakiwandiika ku lukalala lw'abo abaali balekaana." }, { "english": "The story about the president's death had no genuine source.", "luganda": "Ebikwata ku kufa kwa pulezidenti gyebyasibuka teweesigika." }, { "english": "He tested positive for the coronavirus.", "luganda": "Yakeberwa n'asangibwamu ekirwadde kya korona." }, { "english": "The school canceled the intercampus sports games because of the flu outbreak.", "luganda": "Essomero lyasazaamu emizannyo gy'amasomero olw'ekirwadde kya ssenyiga." }, { "english": "The ship's cruise on the Atlantic Ocean lasted for three months.", "luganda": "Ekyombo kyamala emyezi essatu nga kiseeyeeya ku Atlantic Ocean." }, { "english": "She didn't warn her friend about the dangers of abortion.", "luganda": "Teyalabula mukwano gwe ku kabi akali mu kuggyamu olubuto." }, { "english": "The two girls noticed a bond between them immediately.", "luganda": "Amangu ago abawala ababiri baalaba akakwate ke balina." }, { "english": "She was the second best student in her class last term.", "luganda": "Ye yaddirira eyasinga okukola obulungi mu kibiina kye taamu ewedde." }, { "english": "The volleyball team has a chance to move to the second position after today's game.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira gw'ensero erina akakisa okudda mu kifo eky'okubiri oluvannyuma lw'oluzannya lwa leero." }, { "english": "She has a hard-working mentality.", "luganda": "Alina endowooza y'okubeera omukozi omunyiikivu." }, { "english": "He scored twelve points during a basketball match.", "luganda": "Yafuna obubonera kkumi na bubiri mu mpaka z'omupiira gw'ensero." }, { "english": "I am the most paid employee in the organization.", "luganda": "Nze mukozi asinga okusasulwa ssente ennyingi mu kitongole kino." }, { "english": "She lost her job during the pandemic because the company had to downsize.", "luganda": "Yafiirwa omulimu gwe mu kiseera ky'ekirwadde kubanga kampuni yalina okukendeeza ku bakozi." }, { "english": "There has been a drop in the number of tourists because of the pandemic.", "luganda": "Omuwendo gw'abalambuzi gukendedde olw'ekirwadde." }, { "english": "Lockdown has had a severe impact on the economy and people's livelihoods.", "luganda": "Omuggalo gukosezza nnyo eby'enfuna n'embeera z'abantu." }, { "english": "The manager criticizes his work a lot.", "luganda": "Manejja avumirira nnyo omulimu gwe." }, { "english": "The corporation wants to set up offices in the new cities.", "luganda": "Kampuni eyagala kussaawo ofiisi mu bibuga ebipya." }, { "english": "The report has information about the new cities.", "luganda": "Alipoota erimu ebikwata ku bibuga ebipya." }, { "english": "The newspaper has stories from reliable sources.", "luganda": "Ebiri mu lupapula lw'amawulire olwo biva mu nsonda ezeesigika." }, { "english": "A kilogram of fresh beans is four thousand Ugandan shillings in that market.", "luganda": "Mu katale ako kilo emu ey'ebijanjaalo eggula siringisi enkumi nnya mu za Uganda." }, { "english": "His initial statement about the murder differs from his recent one.", "luganda": "Bye yasooka okwogera ku ttemu eryo byawukana ku ebyo by'ayogera kati." }, { "english": "The network services are currently unavailable.", "luganda": "Mu kiseera kino neetiwaaka teriiko." }, { "english": "The organization underpays female employees.", "luganda": "Ekibiina ekyo kisasula abakyala ssente ntono." }, { "english": "Her boss threatened to fire her if she refused to sleep with him.", "luganda": "Mukama we yamutiisatiisa nti ajja kumugoba singa agaana okwebaka naye." }, { "english": "Many people lost their loved ones during the second wave of the coronavirus.", "luganda": "Abantu bangi baafiirwa abaagalwa baabwe mu kitundu eky'okubiri eky'ekirwadde kya korona." }, { "english": "He is a dedicated rugby fan.", "luganda": "Muwagizi munyiikivu ow'omuzannyo gwa rugby." }, { "english": "His company bought more security equipment to improve its security.", "luganda": "Kampuni ye yagula ebyuma ebirala eby'eby'okwerinda okusobola okulongoosa ku by'okwerinda byaayo." }, { "english": "That young man intends to run for the head prefect post.", "luganda": "Omuvubuka oyo ayagala kwesimbawo ku kifo ky'akulira ba pulifekiti." }, { "english": "We grow mushrooms on our farm.", "luganda": "Tulima obutikko ku faamu yaffe." }, { "english": "I wrote an article about diabetes in the school newspaper.", "luganda": "Nnina bye nnawandiika ebikwata ku kirwadde kya sukaali mu lupapula lw'amawulire olw'essomero." }, { "english": "His mother asked him why he was involved in the examination malpractice scandal.", "luganda": "Maama we yamubuuza ensonga lwaki yeenyigira mu mivuyo gy'okubba ebigezo." }, { "english": "We closed the meeting with a prayer.", "luganda": "Olukungaana twaluggalawo n'okusaba." }, { "english": "Elephants are commonly found in Africa.", "luganda": "Enjovu zisangibwa nnyo mu Africa." }, { "english": "It is very possible to be hungry and thirsty at the same time.", "luganda": "Kyangu nnyo okulumwa enjala n'ennyonta mu kiseera kye kimu." }, { "english": "The cat uses its teeth and sharp claws for defense.", "luganda": "Ppuusi ekozesa amannyo gaayo n'amaala amasongovu okwerwanako." }, { "english": "It is good to always be patient.", "luganda": "Kirungi okubeeranga omugumiikiriza." }, { "english": "Of what importance is the tail on an animal?", "luganda": "Omukira gwa mugaso ki ku nsolo?" }, { "english": "His compound has many flowers that make it look bushy.", "luganda": "Oluggya lwe luliko ebimuli bingi ebirulabisa ng'oluzisse." }, { "english": "Lions and crocodiles eat warthogs", "luganda": "Empologoma ne ggoonya birya embizzi ez'omu nsiko." }, { "english": "She managed to heal from all her pain.", "luganda": "Yasobola okuwona obulumi bwe bwonna." }, { "english": "He promised to do anything so that his children can have a good life.", "luganda": "Yasuubiza okukola kyonna ekisoboka abaana be basobole okuba n'obulamu obulungi." }, { "english": "Do not trust liars.", "luganda": "Teweesiga balimba." }, { "english": "She did everything in secret but people still got to know.", "luganda": "Ebintu byonna yabikola mu kyama naye era abantu baabitegeera." }, { "english": "The crops were properly spaced in a row.", "luganda": "Ebirime byaweebwa amabanga agamala." }, { "english": "The cat was moving with its tail lifted.", "luganda": "Ppuusi yali etambula ng'ewanise omukira gwaayo." }, { "english": "Some people managed to escape from the burning building.", "luganda": "Abantu abamu baasobola okuva mu nnyumba eyali ekkute omuliro." }, { "english": "Why do some animals run with their tails lifted?", "luganda": "Lwaki ebisolo ebimu bidduka nga biwanise omukira gwaabyo?" }, { "english": "Many folk songs and dances were performed at the music dance and drama concert.", "luganda": "Ennyimba nnyingi ez'obuwangwa n'amazina byali mu konsati y'ennyimba n'amazina." }, { "english": "There is a small shop near our house.", "luganda": "Waliwo akaduuka akatono okumpi n'ewaffe." }, { "english": "The thin man has a small voice.", "luganda": "Akasajja akatono kalina eddoobi ettono." }, { "english": "It is hot outside.", "luganda": "Ebweeru wookya." }, { "english": "We kept the fish in the fridge.", "luganda": "Ekyennyanja twakitereka mu fiirigi." }, { "english": "He ordered strawberry flavored ice cream.", "luganda": "Yalagiriza bbalaafu alimu ekirungo ky'enkenene." }, { "english": "How do you manage your family?", "luganda": "Amaka go ogaddukanya otya?" }, { "english": "The thief escaped through the window.", "luganda": "Omubbi yafulumira mu ddirisa." }, { "english": "The food did not taste nice today.", "luganda": "Leero emmere tewoomye." }, { "english": "The criminal took himself to the police because of his guilty conscience.", "luganda": "Omuzzi w'emisango yeetwala ku poliisi olw'okuba omuntu we ow'omunda yali amulumiriza." }, { "english": "The stormy winds destroyed most of her crops in the field.", "luganda": "Embuyaga yasaanyaawo ebirime bye ebisinga obungi mu nnimiro." }, { "english": "Her stomach ached after eating food.", "luganda": "Olubuto lwamuluma bwe yamala okulya emmere." }, { "english": "Some street children intentionally run away from home.", "luganda": "Abaana b'okunguudo abamu beeyagalira okudduka awaka." }, { "english": "When the girl got home she removed her school uniform and went to shower.", "luganda": "Omuwala bwe yatuuka ekka yaggyamu yunifoomu ye ey'esomero n'agenda okunaaba." }, { "english": "She ate food and went to sleep.", "luganda": "Yalya emmere n'agenda okwebaka." }, { "english": "The old woman takes care of her grandchildren because her son died.", "luganda": "Musajja mukulu oyo alabirira bazukulu be kubanga mutabani we yafa." }, { "english": "Unlike other grandmothers mine is still very strong and energetic.", "luganda": "Obutafaananako bajjajja abakazi abalala owange akyali mugumu nnyo era alina amaanyi." }, { "english": "Her grandmother taught her how to do house chores.", "luganda": "Jjajja we omukazi yamuyigirizi okukola emirimu gy'awaka." }, { "english": "The jerrycans are all empty.", "luganda": "Ebidommola byonna bikalu." }, { "english": "Nodding the head is a form of nonverbal communication.", "luganda": "Okunyeenya omutwe ngeri emu omuntu gy'ayogeramu nga tayatudde kigambo." }, { "english": "All the arrested criminals denied having committed the crimes.", "luganda": "Abazzi b'emisango bonna abaakwatibwa beegaana omusango ogwo." }, { "english": "The children were out skipping the rope.", "luganda": "Abaana baali bweru nga babuuka omuguwa." }, { "english": "How did she manage to walk on the rope while in space?", "luganda": "Yasobola atya okutambulira ku muguwa nga guli mu bbanga?" }, { "english": "While in courts of law all the witnesses swore to the truth.", "luganda": "Bwe baali mu kkooti y'amateeka abajulizi bonna baalayira nti bajja kwogera amazima." }, { "english": "As the song played on the radio she sang along.", "luganda": "Naye yayimbanga oluyimba bwe lwali lukubibwa ku leediyo." }, { "english": "She mimed the song for the audience.", "luganda": "Yammumunya oluyimba eri abawuliriza." }, { "english": "Something written in a pencil is erasable.", "luganda": "Ekiba kiwandiikiddwa mu kalaamu enkala kisobola okusangulibwa." }, { "english": "Swahili is the most common language in the East African Community.", "luganda": "Oluswayiri lwe lulimi olusinga okwogerwa mu nsi ezikola East African Community." }, { "english": "Lake Victoria is shared by Uganda Kenya and Tanzania.", "luganda": "Ennyanja Victoria eri mu Uganda Kenya ne Tanzania." }, { "english": "He does not like to argue with people.", "luganda": "Tayagala kuwakana na bantu." }, { "english": "She studied in a girls' school.", "luganda": "Yasomera mu ssomero ly'abawala." }, { "english": "Whenever she is scared she shouts out loud.", "luganda": "Buli lw'abaako ky'attidde aleekaanira waggulu." }, { "english": "She slid and fell on the wet floor.", "luganda": "Yaseerera n'aggwa ku fuloowa eyali ettobye." }, { "english": "The children helped their grandmother with the house chores.", "luganda": "Abaana baayambako jjajjabwe omukazi okukola emirimu egy'awaka." }, { "english": "She has a very warm smile.", "luganda": "Alaga essanyu ng'amwennya." }, { "english": "All her friends attended the wedding.", "luganda": "Mikwano gye gyonna gyali ku mbaga." }, { "english": "Why is it so difficult for some people to tell the truth?", "luganda": "Lwaki abantu abamu bazibuwalirwa okwogera amazima?" }, { "english": "She feels guilty for betraying her sister.", "luganda": "Omutima gumulumiriza olw'okulya mu muganda we olukwe." }, { "english": "What is the purpose of a bell?", "luganda": "Ekidde kiba kya ki?" }, { "english": "Farm tools are kept in a dry place so that they do not rust.", "luganda": "Ebikozesebwa mu faamu biterekebwa mu kifo ekikalu bireme kutalaga." }, { "english": "What makes us yawn?", "luganda": "Kiki ekituleetera okwayuuya?" }, { "english": "He sold his field to one of the rich men in the area.", "luganda": "Ennimiro ye yagiguza omu ku basajja abagagga mu kitundu." }, { "english": "Everyone uses their hoe in the garden.", "luganda": "Buli omu akozesa nkumbi ye mu nnimiro." }, { "english": "We use hoes to dig in the field.", "luganda": "Tukozesa enkumbi okulimu mu nnimiro." }, { "english": "Most people in her home village are poor.", "luganda": "Abantu abasinga obungi mu kyalo kye baavu." }, { "english": "The villagers helped the elderly woman to weed her field.", "luganda": "Abantu ab'omu kyalo baayamba nnamukadde omukyala okulima mu nnimiro ye." }, { "english": "What is the purpose of weeding the garden?", "luganda": "Kiruubirirwa ki eky'okulima mu nnimiro?" }, { "english": "After he received his portion of the land he sold it.", "luganda": "Bwe yamala okufuna ekitundu kye ku ttaka yakitunda." }, { "english": "He rested his arms on the chair.", "luganda": "Emikono gye yagiwummuza ku ntebe." }, { "english": "The villagers gather together and drink brewed millet from the pot.", "luganda": "Ab'ekyalo bakungaana wamu ne banywera amalwa ku nsuwa." }, { "english": "What can one do to overcome the addiction to alcohol?", "luganda": "Omuntu ayinza kukola ki okuvvunuuka omuzze gw'okunywa omwenge." }, { "english": "What are some of the tools used for weeding?", "luganda": "Ebimu ku bikozesebwa mu kulima bye biruwa?" }, { "english": "She was very happy when she got a new smartphone.", "luganda": "Yasanyuka nnyo bwe yafuna essimu empya eya simaati." }, { "english": "The thief thanked all the villagers for forgiving him.", "luganda": "Omubbi yeebaza ab'ekyalo bonna olw'okumusonyiwa." }, { "english": "My sisters always helped me with my assignment.", "luganda": "Bannyinaze batera okunyambako okukola emirimu gyange." }, { "english": "How do you help people in your community?", "luganda": "Abantu b'omu kitundu kyo obayamba otya?" }, { "english": "What is the importance of making friends?", "luganda": "Muganyulo ki oguli mu kukola emikwano?" }, { "english": "What happened to their friendship?", "luganda": "Kiki ekyatuuka ku mukwano gwabwe?" }, { "english": "She acquired the piece of land from her grandfather.", "luganda": "Ettaka eryo yalifuna okuva ku jjajjawe omusajja." }, { "english": "My sister and her boyfriend agreed to get married this year.", "luganda": "Muganda wange ne muganzi we baakkiriziganya okufumbiriganwa omwaka guno." }, { "english": "We ought to love others despite their imperfections.", "luganda": "Tulina okwagala abalala wadde nga tebatuukiridde." }, { "english": "She burnt all her old clothes.", "luganda": "Yayokya engoye ze zonna enkadde." }, { "english": "Why are some kingdoms no longer in existence?", "luganda": "Lwaki obwakabaka obumu tebukyaliwo?" }, { "english": "The woman unintentionally beat her child to death.", "luganda": "Omukyala yakuba omwana we n'amutta nga tagenderedde." }, { "english": "The president decided to lock down the whole country because of the pandemic.", "luganda": "Pulezidenti yasalawo okussa eggwanga lyonna ku muggalo olw'ekirwadde." }, { "english": "You might damage your back if you do not sit upright.", "luganda": "Osobola okukosa omugongo gwo singa totuula bulungi." }, { "english": "She lied to us that her parents are whites.", "luganda": "Yatulimba nti bazadde be bazungu." }, { "english": "We collected the fallen mangoes from the ground.", "luganda": "Twalonda emiyembe egyali gigudde wansi." }, { "english": "Some stones are used for decoration.", "luganda": "Amayinja agamu gakozesebwa mu kutonatona." }, { "english": "She went to the salon to wash her hair.", "luganda": "Yagenda mu saaluuni okunaaba mu nviiri ze." }, { "english": "He got rid of all the bed bugs in his house.", "luganda": "Yatta ebikku byonna ebyali mu nnyumba ye." }, { "english": "Most criminals are very hurtless.", "luganda": "Abazzi b'emisango abamu tebalina kisa n'akamu." }, { "english": "The examination will end after three hours from now.", "luganda": "Ekigezo kijja kukoma oluvannyuma lw'essaawa nga ssatu okuva kati." }, { "english": "He divorced his second wife.", "luganda": "Yagattululwa ne mukyala we ow'okubiri." }, { "english": "No people are living at the top of the mountain.", "luganda": "Ku ntikko y'olusozi teri bantu babeerayo." }, { "english": "What causes landslides in mountainous areas?", "luganda": "Kiki ekiviirako ettaka okubumbulukuka mu bitundu eby'ensozi?" }, { "english": "She wears expensive jewelry.", "luganda": "Ayambala amajolobera ag'ebbeeyi." }, { "english": "We broke the big stone into smaller pieces using a hammer.", "luganda": "Twakozesa ennyondo okwasayasa ejjinja eddene." }, { "english": "I fear looking at dead bodies.", "luganda": "Ntya okulaba emirambo." }, { "english": "What is the most valuable stone on planet earth?", "luganda": "Jjinja ki erisinga okuba ery'omuwendo omungi mu nsi?" }, { "english": "Uganda is rich in various minerals.", "luganda": "Mu Uganda mulimu eby'obugagga eby'omu ttaka bingi ebitali bimu." }, { "english": "The land is very valuable.", "luganda": "Ettaka lya muwendo nnyo." }, { "english": "What are some of the safety tips for mountain climbing?", "luganda": "Obumu ku bulagirizi omuntu bw'ayinza okugoberera mu kulinnya olusozi n'atafuna mutawaana bwe buluwa?" }, { "english": "Most big stones are heavy and immovable.", "luganda": "Amayinja amanene agasinga obungi gazitowa era tegava mu kifo." }, { "english": "Eventually everyone reaps what they sow.", "luganda": "Ku nkomerero buli muntu akungula ky'asiga." }, { "english": "The stone landed on his head and crushed him to death.", "luganda": "Ejjinja lyamukuba omutwe ne ligubetenta n'afa." }, { "english": "The truth about the murder case will eventually come out.", "luganda": "Amazima agakwata ku ttemu eryo gajja kuvaayo." }, { "english": "He saved her from the rain by giving her an umbrella.", "luganda": "Yamuwonya okukubwa enkuba bwe yamuwa manvuuli." }, { "english": "Are ants harmful to people?", "luganda": "Enkuyege zaamutawaana eri abantu?" }, { "english": "The leaves dry and fall off the trees during the dry season.", "luganda": "Ebikoola by'omuti bikala era ne biggwa mu kiseera ky'ekyeya." }, { "english": "The dew left water droplets on the leaves and flowers.", "luganda": "Omusulo gwasigala ku bikoola ne ku bimmuli." }, { "english": "Some people believe that there is life after death.", "luganda": "Abantu abamu bakkiriza nti eriyo obulamu oluvannyuma lw'okufa." }, { "english": "I must go to work every day.", "luganda": "Buli lunaku nnina okugenda okukola." }, { "english": "My grandmother had a strong influence on my early childhood.", "luganda": "Jjajja wange omukazi yalina kya maanyi kye yakola ku bulamu bwange nga nkyali muto." }, { "english": "We always sweep the house when it is dirty.", "luganda": "Tutera okweera mu nnyumba ng'egubye." }, { "english": "Even though she was thirsty she took only two sips of water.", "luganda": "Wadde ng'ennyonta yali emuluma yanywaako emmimiro ebiri gyokka." }, { "english": "How true is the common saying that water is life?", "luganda": "Enjogera egamba nti amazzi bwe bulamu ntuufu kwenkana wa?" }, { "english": "What are the sources of water?", "luganda": "Ebifo ebisibukamu amazzi bye biruwa?" }, { "english": "The tree has very many branches.", "luganda": "Omuti gulina amatabi mangi." }, { "english": "He walked in the heavy rain.", "luganda": "Yatambulira mu nkuba ey'amaanyi." }, { "english": "Why are there waves on the lake?", "luganda": "Lwaki ku nnyanja kuliko amayengo?" }, { "english": "He sat down and drank his glass of water.", "luganda": "Yatuula wansi n'anywa giraasi ye ey'amazzi." }, { "english": "The little children waved at their parents while leaving.", "luganda": "Abaana abato baawuubira bazadde baabwe emikono bwe baali bagenda." }, { "english": "The little boy grabbed his mother's leg and would not let go.", "luganda": "Akaleenzi akato kaakwata okugulu kwa maama waako ne kakunywereza ddala." }, { "english": "The bridge was swept away by the heavy water.", "luganda": "Olutindo lwakulusibwa enkuba ey'amaanyi." }, { "english": "People came to save the girl from drowning.", "luganda": "Abantu bajja okutaasa omwana eyali abbira." }, { "english": "Her neighbors refused to help her.", "luganda": "Baliraanwa be baagaana okumuyamba." }, { "english": "Some doves were resting on the tree branch.", "luganda": "Waaliwo amayiba agaali ku matabi g'omuti." }, { "english": "I will stay here until it stops raining.", "luganda": "Nja kubeera wano okutuusa lw'ennalekera awo okutonya." }, { "english": "Drinking alcohol is dangerous for your health.", "luganda": "Okunywa omwenge kya mutawaana eri obulamu bwo." }, { "english": "What causes flooding of rivers?", "luganda": "Kiki ekiviirako emigga okwanjaala?" }, { "english": "The policeman shot him in the leg.", "luganda": "Owa poliisi yamukuba amasasi ku kugulu." }, { "english": "Doves are a symbol of love and peace.", "luganda": "Amayiba kabonero ka kwagala n'emirembe." }, { "english": "What will you eat for supper?", "luganda": "Ekyeggulo ojja kulya ki?" }, { "english": "I could not let the boys kill the white dove at my watch.", "luganda": "Nnali siyinza kuleka baleenzi abo kutta egiba eryeru nga ndaba." }, { "english": "What can I do to reduce the size of my stomach?", "luganda": "Kiki kye nyinza okukola okukendeeza ku bunene bw'olubuto lwange?" }, { "english": "Where do we find ants?", "luganda": "Enkuyege tuzisanga ludda wa?" }, { "english": "How big is your foot?", "luganda": "Ekigere kyo kinene kwenkana wa?" }, { "english": "The little ant bit him and the skin turned red.", "luganda": "Akawuka kamuluma era olususu lwe ne lummyukirira." }, { "english": "The boy jumped from the second floor of the building.", "luganda": "Omuvubka yabuuka okuva ku mwaliriro ogw'okubiri ogw'ennyumba." }, { "english": "There is no need to shout when I can hear you.", "luganda": "Tekyetaagisa kulekaana ng'ate nkuwulira." }, { "english": "She threw a stone and the doves on the ground flew away.", "luganda": "Yakanyuga ejjinja amayiba agaali wansi awo ne gabuuka ne gagenda." }, { "english": "He thanked the waiter for the great service.", "luganda": "Yeebaza omuweereza olw'omulimu omulungi." }, { "english": "He is reading a novel on his phone.", "luganda": "Ekitabo akisomera ku ssimu ye." }, { "english": "The young man was arrested yesterday.", "luganda": "Omuvubuka yakwatibwa jjo." }, { "english": "Why did he fall in love with that girl?", "luganda": "Kiki ekyamuleetera okwagala omuwala oyo?" }, { "english": "You need to have enough money to carry out a wedding ceremony these days.", "luganda": "Ennaku zino olina kuba na ssente nnyingi okusobola okukola embaga." }, { "english": "How can women prevent unnecessary pregnancies?", "luganda": "Abakazi bayinza kukola ki okwewala okufuna embuto ze bateeyagalidde?" }, { "english": "She was born in the forest.", "luganda": "Baamuzaalira mu kibira." }, { "english": "He was working while studying at the same time.", "luganda": "Yali asoma nga bw'akola." }, { "english": "Why do so many relationships end in tears?", "luganda": "Kiki ekiviirako enkolagana abantu gye baba nayo okwonooneka?" }, { "english": "He lives alone in the house.", "luganda": "Abeera yekka mu nnyumba." }, { "english": "Heartbreaks cause stress and depression.", "luganda": "Okumenyeka omutima kuviirako omuntu okwenyamira." }, { "english": "She was separated from her mother at the age of four years.", "luganda": "Yaggyibwa ku nnyina nga wa myaka enna egy'obukulu." }, { "english": "He is planning to wed his new girlfriend.", "luganda": "Ateekateeka kuwasa muganzi we omupya." }, { "english": "She died without giving birth to any child.", "luganda": "Yafa tazadde mwana yenna." }, { "english": "He did not like his stepfather at all.", "luganda": "Yali tayagalira ddala bba wa nnyina." }, { "english": "She was very unhappy about her academic results.", "luganda": "Teyasanyukira byava mu kusoma kwe." }, { "english": "The children want to live with their real father.", "luganda": "Abaana baagala kubeera ne kitaabwe yennyini." }, { "english": "After leaving the miserable marriage she was happy again.", "luganda": "Bwe yava mu bufumbo obwali bumuleetera ennaku yaddamu okufuna essanyu." }, { "english": "Children learn faster with illustrations.", "luganda": "Abaana bayiga mangu bwe basoma nga balabirako ddala bye bayigako." }, { "english": "There is no one like you in this world.", "luganda": "Tewali muntu alinga gwe mu nsi yonna." }, { "english": "Twins usually resemble each other.", "luganda": "Abalongo batera okufaanagana." }, { "english": "The girls shall talk with their mother.", "luganda": "Abawala bajja kwogerako ne maama waabwe." }, { "english": "She has long black hair.", "luganda": "Alina enviiri empaavu ate nga nzirugavu." }, { "english": "Even in her old age her eyes and ears still function very well.", "luganda": "Wadde ng'akaddiye amaaso ge n'amatu ge gakyakola bulungi." }, { "english": "I have never seen him laugh.", "luganda": "Simulabangako ng'aseka." }, { "english": "What can the government do to fight against the rising crimes in the country?", "luganda": "Kiki gavumenti ky'eyinza okukola okulwanyisa obumenyi bw'amateeka obweyongerayongera mu ggwanga?" }, { "english": "What you cannot do others can do.", "luganda": "Gwe ky'otasobola kukola abalala bakisobola." }, { "english": "Everyone is special in their way.", "luganda": "Buli omu wa njawulo mu ngeri ye." }, { "english": "People find it hard to let go of their past.", "luganda": "Abantu kibazibuwalira nnyo okuleka ebyayita." }, { "english": "She looked at him with keen interest.", "luganda": "Yamutunuulira ng'ayoleka okwagala okw'amaanyi kw'amulinako." }, { "english": "She has a skin rash on her face.", "luganda": "Yabutuka ku maaso." }, { "english": "He got another wife.", "luganda": "Yafuna omukyala omulala." }, { "english": "There is no one like you in this world.", "luganda": "Tewali muntu alinga gwe mu nsi yonna." }, { "english": "Witchcraft can cause some people to run mad.", "luganda": "Eddogo lisobola okuleetera abantu abamu okuggwa eddalu." }, { "english": "What makes her different from the other women?", "luganda": "Kiki ekimufuula ow'enjawulo ku bali abakazi abalala?" }, { "english": "The little girl was dressed in torn dirty clothes.", "luganda": "Akawala kaali kambadde engoye enjulifuyulifu ate nga nkyaafu." }, { "english": "One side of his slippers got torn.", "luganda": "Oluuyi olumu olwa sappatu ze lwakutuka." }, { "english": "He did not tell anyone that he was leaving.", "luganda": "Talina gwe yagamba nti yali agenda." }, { "english": "She prefers to do her work alone.", "luganda": "Omulimu gwe ayagala kugukola yekka." }, { "english": "The children were jumping and clapping while playing.", "luganda": "Abaana baali babuuka nga bwe bakuba mu ngalo nga bazannya." }, { "english": "We should prevent children from eating dirty food.", "luganda": "Tulina okukugira abaana okulya emmere enkyafu." }, { "english": "He had never fallen sick.", "luganda": "Yali talwalangako." }, { "english": "Some hospitals do not have adequate medical equipment.", "luganda": "Amalwaliro agamu tegalina bikozesebwa mu kujjanjaba ebimala." }, { "english": "Can someone recover from a mental illness?", "luganda": "Omuntu ayinza okuwona obulwadde bw'omutwe?" }, { "english": "The witch cast a spell on him.", "luganda": "Abalogo baamuloga." }, { "english": "He could not stand by and watch them insult his wife.", "luganda": "Yali tayinza kuyimirira buyimirizi awo nga bavuma mukyala we." }, { "english": "Unboiled water is not safe for drinking.", "luganda": "Amazzi agatali mafumbe si malungi kunywa." }, { "english": "How many maize seasons are there in Uganda?", "luganda": "Mu Uganda mulimu sizoni mmeka ez'okulima kasooli?" }, { "english": "The hoes are kept in a dry place so that they do not rust.", "luganda": "Enkumbi ziterekebwa mu kifo ekikalu zireme kutalaga." }, { "english": "He was weeding his flower bed.", "luganda": "Yali alima mu bimmuli bye ebito." }, { "english": "She used the bucket to fetch water for use on the farm.", "luganda": "Yakozesa akalobo okukima amazzi ag'okukozesa mu faamu." }, { "english": "Farmers are advised to sow groundnut seeds in rows putting one seed per hole.", "luganda": "Abalimi baweebwa amagezi okusimba ebinyeebwa mu nnyiriri era nga mu buli kinnya bateekamu ensigo emu." }, { "english": "Farm work is so tiresome.", "luganda": "Emirimu gy'omu faamu gikooya nnyo." }, { "english": "What are the benefits of laughing?", "luganda": "Mugaso ki oguli mu kuseka?" }, { "english": "What activities are involved in taking care of crops?", "luganda": "Biki ebizingirwa mu kulabirira ebirime?" }, { "english": "Laziness could lead to poverty.", "luganda": "Obugaayavu buyinza okuleeta obwavu." }, { "english": "I cannot leave home without taking breakfast.", "luganda": "Siyinza kuva wakka nga siridde kyankya." }, { "english": "What kind of music do you dance to?", "luganda": "Luyimba lwa ngeri ki oluyinza okukuleetera okuzina?" }, { "english": "Crops growing on a fertile land bear lots of fruits.", "luganda": "Ebirime ebiba bisimbiddwa ku ttaka egimu bibala nnyo." }, { "english": "People harvest coffee with their hands.", "luganda": "Abantu banoga emmwanyi nga bakozesa mikono gyabwe." }, { "english": "The maize husks looked green and fresh.", "luganda": "Ebikuta bya kasooli byali birabika nga byakiragala era nga bikyali bibisi." }, { "english": "Her hair was goldish in color.", "luganda": "Enviiri ze zaali mu laangi ya zaabu." }, { "english": "What are the benefits of eating groundnuts?", "luganda": "Miganyulo ki egiri mu kulya ebinyeebwa?" }, { "english": "She played the part of a wicked stepmother in the play.", "luganda": "Mu muzannyo yazannya kifo kya muka kitaawe omubi." }, { "english": "He has never met his wife's family.", "luganda": "Talabangako ku bazadde ba mukyala we." }, { "english": "How big is your farm?", "luganda": "Faamu yo nnene kwenkana wa?" }, { "english": "He was very happy to see the work she had done.", "luganda": "Yasanyuka nnyo okulaba omulimu gwe yali akoze." }, { "english": "The stranger greeted her but she did not answer.", "luganda": "Omuntu gw'atamanyi yamulamusa naye ye teyamwanukula." }, { "english": "We do not understand why she killed herself.", "luganda": "Tetumanyi nsonga lwaki yetta." }, { "english": "He was investigating his wife's past.", "luganda": "Yali anoonyereza ebikwata ku mukyala we mu biseera eby'emabega." }, { "english": "How do mad people behave?", "luganda": "Abantu abalalu beeyisa batya?" }, { "english": "I have never seen a mad woman like her in all my life.", "luganda": "Mu bulamu bwange bwonna sirabanga mukazi mulalu nga ye." }, { "english": "Most people in the city no longer use firewood for cooking.", "luganda": "Abantu abasinga obungi mu kibuga tebakyakozesa manda mu kufumba." }, { "english": "Being a hot day they went down to the river to swim.", "luganda": "Olw'okuba ebbugumu lyali lingi olunaku olwo baagenda ku nnyanja okuwuga." }, { "english": "He can only swim in a swimming pool.", "luganda": "Asobola kuwugira mu kiddiba mwokka." }, { "english": "It was so late for us to go to the church.", "luganda": "Obudde bwali butuyiseeko okugenda mu kkanisa." }, { "english": "She hurried back home to find her young children.", "luganda": "Yayanguwa okuddayo ekka asange abaana be abato." }, { "english": "Her neck was hurting because she slept in the wrong position.", "luganda": "Ensingo yali emuluma kubanga yali yeebase bubi." }, { "english": "She begged her friend to forgive her for the betrayal.", "luganda": "Yasaba mukwano gwe amusonyiwe olw'okumulyamu olukwe." }, { "english": "It was too late for her to travel alone in the night.", "luganda": "Obudde bwali buyise okutambula yekka ekiro." }, { "english": "In times of calamity foreigners usually travel back to their home countries.", "luganda": "Bwe wabaawo akatyabaga abagwiira batera okuddayo mu nsi zaabwe." }, { "english": "The bride was wearing a silver necklace.", "luganda": "Omugole yali ayambadde ak'omu bulago nga ka laangi ya ffeeza." }, { "english": "It was too dark for me to see anything in the room.", "luganda": "Enzikiza yali ekutte nnyo nga sisobola kulaba kintu kyonna mu kisenge." }, { "english": "We switched off the lights while going to bed.", "luganda": "Twaggyako amataala nga tugenda okwebaka." }, { "english": "She accidentally knocked her head on the wall.", "luganda": "Mu butanwa yakoona omutwe gwe ku kisenge." }, { "english": "What do you want me to buy for you on your birthday?", "luganda": "Oyagala nkugulire ki ku lunaku lw'amazaalibwa go?" }, { "english": "The dog cannot bite its master.", "luganda": "Embwa tesobola kuluma mukama waayo." }, { "english": "She made sure that no one sees her while she was entering the shrine.", "luganda": "Yakola kyonna okukakasa nti tewabaawo amulaba ng'ayingira mu ssabo." }, { "english": "I have never cooked millet before.", "luganda": "Sifumbangako ku kalo." }, { "english": "It is the women's obligation to cook food in a home.", "luganda": "Buvunaanyizibwa bwa mukazi mu maka okufumba emmere." }, { "english": "Dogs naturally eat small animals like rabbits and hens.", "luganda": "Embwa zitera kulya obusolo obutonotono ng'obumyu n'enkoko." }, { "english": "The dogs are tied up in the kennel during the day.", "luganda": "Emisana embwa bazisibira mu nnyumba yaazo." }, { "english": "I lay my bed every morning.", "luganda": "Obuliri bwange mbwaala buli ku makya." }, { "english": "He bought a furnished bed from the carpenter.", "luganda": "Yagula ekitanda ekirabika obulungi okuva ku mubaazi." }, { "english": "The maid wakes up very early in the morning to cook breakfast for us.", "luganda": "Omukozi akeera ku makya nnyo okuzuukuka n'atufumbira eky'enkya." }, { "english": "I rarely visit my friends.", "luganda": "Sitera kukyalira mikwano gyange." }, { "english": "What kind of house chores do you do while at home?", "luganda": "Mirimi ki egy'awaka gy'okola ng'oli wakka?" }, { "english": "He cuts off his hair every month.", "luganda": "Buli mwezi asalako enviiri ze." }, { "english": "We kept the broom behind the door.", "luganda": "Olweeyo twalutereka mabega w'olugi." }, { "english": "Running away from your problems is a sign of cowardice.", "luganda": "Buba butiitiizi okuduuka ebizibu byo." }, { "english": "The police is looking for the murderers.", "luganda": "Poliisi ennoonya abatemu." }, { "english": "Where are you studying from?", "luganda": "Osomera ludda wa?" }, { "english": "He keeps his shoes under the bed.", "luganda": "Engatto ze aziteeka wansi w'ekitanda." }, { "english": "She has a lot of hair.", "luganda": "Alina eviiri nnyingi nnyo." }, { "english": "There are three cows in the kraal.", "luganda": "Mu kiraalo mulimu ente ssatu." }, { "english": "Her conversation was too complicated.", "luganda": "Bye yali ayogerako byali tebitegeerekeka bulungi." }, { "english": "People have started up businesses in the village.", "luganda": "Abantu batandiseewo bizineensi mu byalo." }, { "english": "He hit her with a big stick on the head and she fainted.", "luganda": "Yamukubisa omuggo omunene ku mutwe n'azirika." }, { "english": "We have never seen each other since last Christmas.", "luganda": "Tetuddangayo kulabagana okuva ku Ssekkukkulu eyayita." }, { "english": "The journey was longer than we thought.", "luganda": "Olugendo lwali luwanvu nnyo okusinga bwe twali tulowooza." }, { "english": "He is currently living in a hotel.", "luganda": "Ennaku zino asula mu wooteeri." }, { "english": "What do you do for a living?", "luganda": "Okola ki ekikuyimirizaawo?" }, { "english": "He does not celebrate his birthday.", "luganda": "Takuza mazaalibwa ge." }, { "english": "She wants to live in the city.", "luganda": "Ayagala kubeera mu kibuga." }, { "english": "He does not know why his parents do not live together.", "luganda": "Tamanyi nsonga lwaki bazadde be tebabeera wamu." }, { "english": "My parents are God-fearing.", "luganda": "Bazadde bange batya Katonda." }, { "english": "My uncle gave me a wonderful present at my graduation party.", "luganda": "Kojja wange yampa ekirabo ekirungi ennyo ku mukolo ggwange ogw'amattikira." }, { "english": "He brought for her a cute puppy at home.", "luganda": "Yamuleetera awaka akabwa akalabika obulungi." }, { "english": "Her mother knows all her friends.", "luganda": "Maama we amanyi mikwano gye gyonna." }, { "english": "Names are used for identity.", "luganda": "Amannya gakozesebwa okusobola okwawulawo omuntu omu ku mulala." }, { "english": "My uncle was surprised to know that his wife was cheating on him.", "luganda": "Kojja yakyewuunya nnyo okukimanya nti mukyala we mwenzi." }, { "english": "We call her by her first name.", "luganda": "Tumuyita linnya lye erisooka." }, { "english": "He doesn't have siblings.", "luganda": "Talina baganda be." }, { "english": "When our dog gave birth we sold off the puppies.", "luganda": "Embwa yaffe bwe yazaala twatunda obwana bwaayo." }, { "english": "Her twin brothers do not resemble each other.", "luganda": "Baganda be abalongo tebafaanagana." }, { "english": "He was very excited to see his brother.", "luganda": "Yasanyuka nnyo okulaba muganda we." }, { "english": "The couple does not talk to each other so often.", "luganda": "Abafumbo abo tebatera kunyumya." }, { "english": "She used to keep her money in a wooden savings box.", "luganda": "Yaterekanga ssente ze mu kasanduuko ak'ekibaawo." }, { "english": "His assumption was right.", "luganda": "Kye yali ateebereza kyali kituufu." }, { "english": "What is involved in looking after a dog?", "luganda": "Biki ebizingirwa mu kulabirira embwa?" }, { "english": "What are the benefits of doing body exercises?", "luganda": "Miganyulo ki egiri mu kukola dduyiro?" }, { "english": "Eating a balanced diet keeps the body strong and healthy.", "luganda": "Okulya emmere erimu ekiriisa eyamba omubiri okuba n'amaanyi era nga mulamu bulungi." }, { "english": "He could not afford to look after his family.", "luganda": "Yali tasobola kulabirira ba mu maka ge." }, { "english": "She asked me to help her nurse her wounds.", "luganda": "Yansaba muyambeko okujjanjaba ebiwundu bye." }, { "english": "Loneliness could lead to depression.", "luganda": "Omuntu okubeera yekka kiyinza okumuviirako okwenyamira." }, { "english": "He stopped playing at the age of fourteen years.", "luganda": "Yalekera awo okuzannya ng'aweza emyaka egy'obukulu kkumi n'ena." }, { "english": "She refused to smile in the pictures.", "luganda": "Yagaana okumwenyeza mu kifaananyi." }, { "english": "She ate very little food at the party.", "luganda": "Yalya mmere ntono nnyo ku mbaga." }, { "english": "He was worried about his children's health.", "luganda": "Yali yeeraliikirira embeera y'obulamu ey'abaana be." }, { "english": "Different organizations have come up to help vulnerable people in society.", "luganda": "Ebibiina ebitali bimu bivuddeyo okuyamba abantu abateesobola." }, { "english": "When she heard his voice she rushed out of the house to see him.", "luganda": "Bwe yawulira eddoozi lye yayanguwa okuva mu nnyumba amulabe." }, { "english": "Why do dogs bark?", "luganda": "Lwaki embwa ziboggola?" }, { "english": "Hugs are a sign of friendship.", "luganda": "Okunywegeragana kabonero akalaga omukwano." }, { "english": "He changed his old ways.", "luganda": "Yakyusa engeri gye yali yeeyisaamu." }, { "english": "My friend is not married.", "luganda": "Mukwano gwange si mufumbo." }, { "english": "The man has a big wound on his leg.", "luganda": "Omusajja alina ebbwa ddene ku kugulu kwe." }, { "english": "He could not stand upright because of his aching back.", "luganda": "Yali tayinza kuyimirira butereevu olw'omugongo ogwali gumuluma." }, { "english": "He lives with his wife and their three children.", "luganda": "Abeera ne mukyala we n'abaana baabwe abasatu." }, { "english": "The couple had three sons and one daughter.", "luganda": "Abafumbo abo baalina abaana basatu ab'obuleenzi n'omuwala omu." }, { "english": "What is the name of the company you are working for?", "luganda": "Kampuni gy'okolera bagiyita batya?" }, { "english": "The duty of the nurse was to take care of the old woman.", "luganda": "Omulimu gw'omusawo gwali gwa kulabirira mukazi mukulu." }, { "english": "His son works for the government.", "luganda": "Mutabani we akolera gavumenti." }, { "english": "I admire her beautiful eyes.", "luganda": "Nneegomba amaaso ge agalabika obulungi." }, { "english": "We all respected father's decision.", "luganda": "Ffenna twassaamu ekitiibwa okusalawo kwa taata." }, { "english": "Her parents want a good husband for her.", "luganda": "Bazadde be bamwagaliza omwami omulungi." }, { "english": "He was fired from work because he failed to perform his duties.", "luganda": "Yagobebwa ku mulimu kubanga yalemererwa okukola emirimu gye." }, { "english": "The couple has been married for ten years now.", "luganda": "Baakamala emyaka kkumi nga bafumbo." }, { "english": "He used herbal medicine to cure his illness.", "luganda": "Yakozesa eddagala ly'ekinnansi okuwonya obulwadde bwe." }, { "english": "Some people believe in evil spirits.", "luganda": "Abantu abamu bakkiririza mu myoyo emibi." }, { "english": "He returned without his car because it had been stolen.", "luganda": "Yadda nga talina mmotoka ye kubanga yali ebbiddwa." }, { "english": "There are many beaches on Lake Victoria.", "luganda": "Ku nnyanja Victoria kuliko emyalo mingi." }, { "english": "She felt worried that someone might discover her secret.", "luganda": "Yeeraliikirira nti wayinza okubaawo azzuula ebyama bye." }, { "english": "The fishermen go fishing in the evening.", "luganda": "Abavubi bagenda okuvuba akawungeezi." }, { "english": "He forgot to pick his children from school yesterday.", "luganda": "Olunaku lwa jjo yeerabira okunona abaana be ku ssomero." }, { "english": "She made up her mind to stop taking drugs.", "luganda": "Yasalawo okulekera awo okukozesa ebiragalalagala." }, { "english": "Most of the furniture is made out of wood.", "luganda": "Ebintu by'omu nju ebisinga obungi bikolebwa mu mbaawo." }, { "english": "The old woman uses firewood to cook.", "luganda": "Mukazi mukulu akozesa nku okufumba." }, { "english": "She expressed her gratitude by kneeling down.", "luganda": "Yayoleka okusiima kwe ng'afukamira wansi." }, { "english": "What do people get from taking drugs?", "luganda": "Abantu bafunamu ki bwe bakozesa ebiragalalagala?" }, { "english": "There was a crocodile resting on the shores of the lake.", "luganda": "Ku lubalama lw'ennyanja kwaliko ggoonya." }, { "english": "The children are watching a cartoon movie.", "luganda": "Abaana balaba katuuni." }, { "english": "She fell asleep in the car.", "luganda": "Yeebakira mu mmotoka." }, { "english": "When the police were chasing him he decided to dive into the lake.", "luganda": "Poliisi bwe yali emugoba yasalawo okugwa mu nnyanja." }, { "english": "What are some of the commonly used herbs in Uganda?", "luganda": "Ddagala ki ery'ekinnansi erisinga okukozesebwa mu Uganda?" }, { "english": "She was able to swim from one island to another.", "luganda": "Yasobola okuwuga okuva ku kizinga ekimu okudda ku kirala." }, { "english": "He was attacked by evil spirits and died.", "luganda": "Yalumbibwa emyoyo emibi era n'afa." }, { "english": "She loves listening to gospel music.", "luganda": "Ayagala nnyo okuwuliriza ennyimba z'eddiini." }, { "english": "Society perceives men as strong and energetic.", "luganda": "Abantu balowooza nti abasajja baba bagumu ate nga b'amaanyi." }, { "english": "Are there any negative effects of using herbal medicine?", "luganda": "Waliwo ekikyamu kyonna mu kukozesa eddagala ly'ekinnansi?" }, { "english": "People are scared of losing their lives.", "luganda": "Abantu batya okufiirwa obulamu bwabwe." }, { "english": "She has a melodious voice.", "luganda": "Alina eddoboozi esseneekerevu." }, { "english": "Most of the songs she has sung were written by other people.", "luganda": "Ennyimba ezisinga obungi ze yayimba abantu abalala be baazimuwandiikira." }, { "english": "He won the elections because most people in the village knew him.", "luganda": "Yawangula akalulu kubanga abantu abasinga obungi mu byalo baali bamumanyi." }, { "english": "We were waiting for him at the airport.", "luganda": "Twali tumulindidde ku kisaawe ky'ennyonyi." }, { "english": "Do you think herbs are better than conventional medicine?", "luganda": "Olowooza eddagala ly'ekinnansi ddungi okusinga ery'ekizungu?" }, { "english": "The entire village welcomed the Olympics gold medalist in a special way.", "luganda": "Ekyalo kyonna kya yaniriza mu ngeri ey'enjawulo oyo eyawangula omudaali ogwa zaabu ku mpaka za olimpiki." }, { "english": "Once you are an adult you are free to do whatever pleases you.", "luganda": "Bw'oba ng'oli muntu mukulu obeera wa ddembe okukola ekintu kyonna ekikusanyusa." }, { "english": "What causes people to become lazy?", "luganda": "Kiki ekireetera abantu okuba abagayaavu." }, { "english": "I boiled the tea from the kettle.", "luganda": "Kyaayi nnamufumbira mu bbinika." }, { "english": "The axe is commonly used to cut firewood.", "luganda": "Embazi etera kukozesebwa okwasa enku." }, { "english": "The words of encouragement stirred up her spirit.", "luganda": "Ebigambo ebizzaamu amaanyi byamuleetera okuba omunyiikivu." }, { "english": "I swept and mopped the floor in the morning.", "luganda": "Nnayera era ne nsimmula fuloowa ku makya." }, { "english": "My sister washes the dishes every after a meal.", "luganda": "Mwannyinaze ayoza ebintu buli lwe tumala okulya emmere." }, { "english": "She always worked hard while her sisters were busy playing.", "luganda": "Bulijjo akola nnyo nga bannyina bo bazannya." }, { "english": "Look out for friends that shall add value to you.", "luganda": "Nnoonya emikwano eginaakuyamba." }, { "english": "What is the capital city of Nigeria?", "luganda": "Ekibuga ekikulu ekya Nigeria kiyitibwa kitya?" }, { "english": "How is the football game played?", "luganda": "Omuzannyo gw'omupiira guzanyibwa gutya?" }, { "english": "Ghana and Nigeria are neighboring countries.", "luganda": "Ghana ne Nigeria nsi za muliraano." }, { "english": "Most international footballers have very many fans.", "luganda": "Abazannyi b'omupiira abaguzannyira mu nsi yonna abasinga obungi balina abawagizi bangi." }, { "english": "People were very happy when the criminals were arrested.", "luganda": "Abantu baasanyuka nnyo abazzi b'emisango bwe baakwatibwa." }, { "english": "Invitation cards were given to only close family members and friends.", "luganda": "Kaadi eziyita abantu zaaweebwa ab'omu maka ab'oku lusegere bokka n'ab'emikwano." }, { "english": "Fourteen players make up a football team.", "luganda": "Abazannyi kkumi na bana be bakola ttiimu y'omupiira." }, { "english": "How many countries are in Africa?", "luganda": "Ensi mmeka eziri mu Afirika?" }, { "english": "Who is your favorite football player?", "luganda": "Muzannyi ki ow'omupiira gw'osinga okwagala?" }, { "english": "He is an experienced footballer.", "luganda": "Alina obumanyirivu mu kuzannya omupiira." }, { "english": "Is playing football a skill or a talent?", "luganda": "Kyetaagisa bukugu oba kitone okuzannya omupiira?" }, { "english": "What countries are in the East African Community?", "luganda": "Nsi ki eziri mu East African Community?" }, { "english": "He managed to score three goals during the match.", "luganda": "Yasobola okuteeba goola ssatu mu muzannyo." }, { "english": "All the players on the same team should be united.", "luganda": "Abazannyi bonna abali mu ttiimu y'emu basaanidde okuba obumu." }, { "english": "He moved with his family to Rwanda.", "luganda": "Yaganda n'ab'omu maka ge e Rwanda." }, { "english": "During his trip he traveled to different countries.", "luganda": "Mu lugendo lwe yagenda mu nsi ezitali zimu." }, { "english": "The goalkeeper must be attentive during the match.", "luganda": "Omukwasi wa ggoolo alina okuba obulindaala ng'omuzannyo gugenda mu maaso." }, { "english": "The African continent majorly has black people.", "luganda": "Abantu abadugavu be basinga obungi mu ssemazinga wa Afirika." }, { "english": "Which part of Uganda is Mountain Rwenzori found?", "luganda": "Olusozi Rwenzori lusangibwa mu kitundu ki mu Uganda?" }, { "english": "Mountains attract tourists into the country.", "luganda": "Ensozi zisikiriza abalambuzi mu ggwanga." }, { "english": "Most of the things in the shop are expired.", "luganda": "Ebintu ebisinga obungi mu dduuka byayitako ekiseera." }, { "english": "Tortoises have a hard shell on the back.", "luganda": "Enfuddu ziba n'ebiwaawo ebigumu ku mugongo." }, { "english": "Her necklace was very beautiful.", "luganda": "Eky'omu bulago kye kyali kirabika bulungi nnyo." }, { "english": "There are many baboons in the zoo.", "luganda": "Mu kkuumiro ly'ebisolo eriyo enkobe nnyingi." }, { "english": "Baboons and chimpanzees look alike.", "luganda": "Enkobe n'amazike bifaanagana." }, { "english": "Some crops don't grow well in rocky areas.", "luganda": "Ebirime ebimu tebikula bulungi mu bitundu ebirimu enjazi." }, { "english": "The big tree in the compound was cut down.", "luganda": "Omuti omunene ogwali mu luggya gwatemebwa." }, { "english": "What happens when mountains erupt?", "luganda": "Kiki ekibaawo ensozi bwe ziwandula omuliro?" }, { "english": "She was wearing a rosary around her neck.", "luganda": "Yali ayambadde sapule mu bulago bwe." }, { "english": "Some trees have very big roots.", "luganda": "Emiti egimu girina emirandira minene nnyo." }, { "english": "His car was crushed in the accident.", "luganda": "Emmotoka ye yatomerwa mu kabenje." }, { "english": "Her husband told her to convert to his religion.", "luganda": "Omwami we yamugamba akyuke adde mu ddiini ye." }, { "english": "Petrol is highly flammable.", "luganda": "Amafuta ga petulooli gakwata mangu omuliro." }, { "english": "The raging fire burnt the grass.", "luganda": "Oluyiira lwayoka omuddo." }, { "english": "Roots hold trees firmly into the ground.", "luganda": "Emirandira ginyweza emiti mu ttaka." }, { "english": "Bush burning is an illegal activity in Uganda.", "luganda": "Kimenya amateeka mu Uganda okukoleeza oluyiira." }, { "english": "The roads are very dusty.", "luganda": "Amakubo galimu enfufu nnyingi." }, { "english": "The clouds appeared when it was threatening to rain.", "luganda": "Ebire byalabika enkuba bwe yali ng'eyagala okutonya." }, { "english": "What are the benefits of conserving forests?", "luganda": "Miganyulo ki egiri mu kulekawo ebibira?" }, { "english": "She is staying at her friends' home for the time being.", "luganda": "Akyabeerako mu maka ga mukwano gwe." }, { "english": "The sky is far above the earth.", "luganda": "Obwengula buli wala nnyo okuva ku nsi." }, { "english": "At what time do you wake up?", "luganda": "Ozuukuka ssaawa mmeka?" }, { "english": "The students have their breakfast at ten o'clock while at school.", "luganda": "Abayizi eky'enkya bakifuna ku ssaawa nnya nga bali ku ssomero." }, { "english": "Most schools provide lunch to their students.", "luganda": "Amasomero agasinga obungi gawa abayizi eky'emisana." }, { "english": "The bread got spoilt after four days.", "luganda": "Omugaati gwayonooneka oluvannyuma lw'ennaku nnya." }, { "english": "How many slices does a loaf of bread have?", "luganda": "Omugaati omulamba gubaamu ebibajjo bimmeka?" }, { "english": "The table took up most of the space in the room.", "luganda": "Emmeeza yatwala ekifo ekisinga obunene mu kisenge." }, { "english": "I take two spoonfuls of sugar in a cup of milk.", "luganda": "Mu kikopo ky'amata nteekamu ebigiiko bibiri ebya sukaali ebijjudde." }, { "english": "She bought irish potatoes and made chips for herself.", "luganda": "Yagula obumonde obuzungu ne yeekolera kipusi." }, { "english": "He is worried because things are not going well at his shop.", "luganda": "Mweraliikirivu kubanga ebintu tebigenda bulungi mu dduuka lye." }, { "english": "The discussion that started well ended in an argument.", "luganda": "Emboozi eyatandika obulungi yagenda okufundikira nga bayombye." }, { "english": "Most businesses survive on the existence of customers.", "luganda": "Bizineensi ezisinga obungi zibaawo singa oba ne bakasitoma." }, { "english": "The shopkeeper cut down some of the costs in order to attract customers.", "luganda": "Omutunzi w'edduuka yasala ku miwendo asobole okusikiriza bakasitoma." }, { "english": "She bought lunch from the canteen.", "luganda": "Ekyemisana yakigula mu kantiini." }, { "english": "Money must be spent.", "luganda": "Ssente zirina okusaasanyizibwa." }, { "english": "She received a letter from her sponsors.", "luganda": "Yafuna ebbaluwa okuva mu bamuwa obuyambi." }, { "english": "Chips and chicken are the most common snack combination.", "luganda": "Kipusi n'enkoko y'emmere abantu gye basinga okwettanira." }, { "english": "The queue in the banking hall was so long.", "luganda": "Ennyiriri zaali mpaanvu nnyo mu bbanka." }, { "english": "She waits for her husband to return home every night.", "luganda": "Alindirira omwami we okudda ekka buli kiro." }, { "english": "The friends get together once a month to pray.", "luganda": "Ab'emikwano bakungaana omulundi gumu buli mwezi okusaba." }, { "english": "She frowned her face in disgust.", "luganda": "Yeenyinyiwala." }, { "english": "The men were staring at the beautiful girl.", "luganda": "Abasajja baali batunuulira omuwala alabika obulungi." }, { "english": "Some people are worried about the fact that others might become better than them.", "luganda": "Abantu abamu beeraliikirivu olw'okuba nti abalala bayinza okuba obulungi okubasinga." }, { "english": "Villagers were requested to work closely with the police in order to fight crime.", "luganda": "Abantu b'ekyalo baakubirizibwa okukolagana ne poliisi okusobola okulwanyisa obumenyi bw'amateeka." }, { "english": "The drinks were enough for the invited guests.", "luganda": "Eby'okunywa byali bimala abagenyi abayite." }, { "english": "He is a very sensitive person.", "luganda": "Anyiiga mangu nnyo." }, { "english": "What items does he sell in his shop?", "luganda": "Bintu ki by'atunda mu dduuka lye?" }, { "english": "We took a photograph of a beautiful parrot at the zoo yesterday.", "luganda": "Olunaku lwa jjo twakubye ekifaananyi ky'enkusu erabika obulungi mu kkuumiro ly'ebisolo." }, { "english": "Some women are attracted to well-dressed men.", "luganda": "Abakazi abamu basikirizibwa nnyo eri abasajja ababa bambadde obulungi." }, { "english": "That musician sang an inspirational song during the women's day celebrations.", "luganda": "Omuyimbi oyo yayimba oluyimba oluzzaamu amaanyi ku mukolo ogw'okukuza olunaku lw'abakyala." }, { "english": "The government has released funds for the construction of a reception office in this game park.", "luganda": "Gavumenti ewaddeyo ssente ez'okuzimba ofiisi abagenyi we batuukira mu kkuumiro lino ery'ebisolo." }, { "english": "The president has announced that he will not be contesting for another term in office.", "luganda": "Pulezidenti alangiridde nti tajja kwesimbawo kuvuganya ku kisanja ekirala." }, { "english": "That company has appointed a new committee to handle advertising.", "luganda": "Kampuni eyo eronze akakiiko akalala akanaakola ku by'okulanga." }, { "english": "She donated five thousand Ugandan shillings from her savings box to support the orphans.", "luganda": "Yawaayo siringi enkumi ttaano mu za Uganda okuva mu kasanduuko ke mw'atereka ssente ziyambe bamulekwa." }, { "english": "Italy records over one thousand coronavirus cases every day.", "luganda": "Mu Italy abantu abakwatibwa ekirwadde kya korona buli lunaku basukka mu lukumi." }, { "english": "There is goat racing at the playground this afternoon.", "luganda": "Mu kisaawe leero wagenda kubaayo empaka z'embuzi." }, { "english": "Our team earned four points from yesterday's football match.", "luganda": "Ttiimu yaffe yafunye obubonero buna mu mupiira ogwazanyiddwa jjo." }, { "english": "There are seven games left for the interschool netball league to end.", "luganda": "Wakyasigaddeyo emizannyo ena liigi eno ey'amasomero ey'okubaka eggwe." }, { "english": "She resigned from her job because she wants to start a bakery.", "luganda": "Yalekulira omulimu gwe kubanga ayagala kutandikawo bbeekeri." }, { "english": "My father has been appointed by the president as a member of the court.", "luganda": "Pulezidenti alonze kitange okuba omu ku bamemba mu kkooti." }, { "english": "The late general died in a car accident this morning.", "luganda": "Genero omugenzi yafiiridde mu kabenje k'emmotoka leero ku makya." }, { "english": "We grow beans on our farm.", "luganda": "Ku faamu yaffe tulimako bijjanjaalo." }, { "english": "The president announced the new cities during his address this morning.", "luganda": "Mu kwogera kwe ku makya leero pulezidenti yalangiridde ebibuga ebipya." }, { "english": "The elections for city mayors will be held next week.", "luganda": "Okulonda ba meeya b'ebibuga kujja kubaawo wiiki ejja." }, { "english": "The police has rescued fifteen young girls who were being trafficked.", "luganda": "Poliisi yanunudde abawala kumi na bataano ababadde bakukusibwa." }, { "english": "The minimum wage for an employee in Uganda is six thousand Ugandan shillings.", "luganda": "Ssente ezisingayo okuba eza wansi eziweebwa omukozi mu Uganda ziri kakaaga." }, { "english": "The locals planted trees along the riverbank.", "luganda": "Abatuuze baasimba emiti ku lubalama lw'ennyanja." }, { "english": "There have been many accidents on this road because of the potholes.", "luganda": "Ekkubo lino libaddemu obubenje bungi olw'ebinnya ebirulimu." }, { "english": "The water levels in Lake Victoria are rising because of the recent heavy rains.", "luganda": "Amazzi g'ennyanja Nalubaale geeyongedde obungi olw'enkuba ebadde effuddemba." }, { "english": "The locals lost all their property during the floods yesterday.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu baafiiriddwa ebintu byabwe byonna mu mataba agaabaddewo jjo." }, { "english": "The locals were relocated to a safe area because there is a chance of another landslide happening.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu baasengeddwa ne batwalibwa mu kifo ekirala kubanga kisuubirwa nti wajja kubaawo okubumbulukuka kw'ettaka okulala." }, { "english": "He warned the locals that drinking unboiled water would infect them with typhoid.", "luganda": "Yalabula abantu b'omu kitundu nti okunywa amazzi agatali mafumbe kijja kubaleetera okulwala omusujja gwa tayifodi." }, { "english": "Polluting the water with chemical waste poisons the water and kills fish.", "luganda": "Okuyiwa ebikyaafu mu mazzi kireetera amazzi okubaamu obutwa era n'eby'ennyanja ne bifa." }, { "english": "Some areas in the country are experiencing prolonged famine.", "luganda": "Ebitundu ebimu mu ggwanga bibaddemu enjala okumala ebbanga ddene." }, { "english": "The poachers killed all the white rhinoceroses in this game park.", "luganda": "Abayizzi batta enkula zonna mu kkuumiro ly'ebisolo lino." }, { "english": "There have been several floods around the country because of the heavy rains.", "luganda": "Wabaddewo amataba mu ggwanga lyonna olw'enkuba ebadde effuddemba." }, { "english": "The coronavirus was first detected in bats.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kyasooka kuzuulibwa mu binyira." }, { "english": "My father caught two fish in the river yesterday.", "luganda": "Taata wange yavubye eby'ennyanja bibiri mu mugga olunaku lwa jjo." }, { "english": "She hopes to be a successful engineer in the future.", "luganda": "Asuubira okubeera yinginiya omulungi mu biseera eby'omu maaso." }, { "english": "My mother donated food to the orphanage yesterday.", "luganda": "Olunaku lwa jjo maama wange yawaddeyo emmere eri amaka ga bamulekwa." }, { "english": "The locals are advised to eat a balanced diet to boost their immunity during the pandemic.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu bakubirizibwa okulya emmere erimu ekiriisa okusobola okutumbula amaanyi g'omubiri gwabwe mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "The president encouraged the women to start small-scale businesses to support their families.", "luganda": "Pulezidenti yakubiriza abakazi okwetandikirawo bubizineensi obutonotono okusobola okulabirira ab'omu maka gaabwe." }, { "english": "It was unusual for us to wear face masks before coronavirus affected the world.", "luganda": "Tekyali kya bulijjo ffe okwambala masiki ekirwadde kya korona bwe kyali nga tekinnaba kujja mu nsi." }, { "english": "This country has many other problems besides the coronavirus pandemic.", "luganda": "Eggwanga lino lirina ebizibu ebirala ng'oggyeko ekirwadde kya korona." }, { "english": "That organization has donated a lot of money to support the less privileged during the pandemic.", "luganda": "Ekibiina ekyo kiwaddeyo ssente nnyingi okusobola okuyamba abantu abateesobola mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "The refugees complained that they cannot afford simple basic needs for their families.", "luganda": "Abanoonyi b'obubudamo beemulugunyizza nti tebasobola kwetuusaako wadde obuntu obutonotono ab'omu maka gaabwe bye beetaaga." }, { "english": "The school has raised one hundred fifty million Ugandan shillings for a new bus.", "luganda": "Essomero lisonze ssente eziwera obukadde kikumi mu attaano eza Uganda okusobola okugula bbaasi empya." }, { "english": "That hospital is providing free medical care to flood victims.", "luganda": "Eddwaliro eryo lijjanjabira ku bwereere abantu abaakosebwa amataba." }, { "english": "She requested the parliament to set strict laws against deforestation.", "luganda": "Yasaba palamenti esseewo amateeka amakakali ku bikwata ku kusaanyaawo ebibira." }, { "english": "The roots of the trees hold the soil particles together to prevent soil erosion.", "luganda": "Emirandira gy'emiti ginyweza ettaka ne litakulukusibwa mukoka." }, { "english": "She is raising awareness about protecting the environment from pollution.", "luganda": "Akubira abantu omulanga ku ngeri y'okukuumamu obutonde bw'ensi buleme kwonoonebwa emikka egy'obutwa." }, { "english": "Steep slopes have poor soils that are prone to erosion.", "luganda": "Ebifo ebirimu ebikko eby'amaanyi bibaamu ettaka bbi erisobola okukulukusibwa mukoka." }, { "english": "Terraces reduce the speed of running water along the slopes.", "luganda": "Ensalosalo ziyamba okukendeeza ku sipiidi amazzi kwe gaduukira mu bitundu ebirimu ebikko." }, { "english": "The government has ordered that anyone found fishing illegally on the lakes should be arrested.", "luganda": "Gavumenti eragidde nti omuntu yenna asangibwa ng'avuba mu ngeri emenya amateeka akwatibwe." }, { "english": "Forests help in rainfall formation which makes our crops grow.", "luganda": "Ebibira biyamba mu kutonyesa enkuba era kino kisobozesa ebirime byaffe okukula." }, { "english": "The company has hired two security guards to protect their offices.", "luganda": "Kampuni epangisizza abakuumi babiri okusobola okukuuma ofiisi zaabwe." }, { "english": "There are over one thousand plant species in the world.", "luganda": "Mu nsi mulimu ebikka by'ebimera ebisukka mu lukkumi." }, { "english": "The government has put focus on guarding the game parks against poachers.", "luganda": "Gavumenti ettadde essira mu kukuuma ekkuumiro ly'ebisolo abayizzi baleme kutta bisolo." }, { "english": "During the minister's speech he encouraged the locals to protect the environment.", "luganda": "Mu kwogera kwe minisita yakubiriza abantu b'omu kitundu okukuuma obutonde bw'ensi." }, { "english": "The entire world is currently focused on the fight against the coronavirus.", "luganda": "Mu kiseera kino ensi yonna essira eritadde mu kulwanyisa ekirwadde kya korona." }, { "english": "The students have learned about the dangers of polluting the environment.", "luganda": "Abayizi bayize ebikwata ku kabi akali mu kwonoona obutonde bw'ensi." }, { "english": "She advised the locals to stop cutting down trees for timber.", "luganda": "Yawa abantu b'omu kitundu amagezi balekere awo okutema emiti okugisalamu embaawo." }, { "english": "We planted trees along the roadside.", "luganda": "Twasimba emiti ku mabbali g'oluguudo." }, { "english": "The article about the dangers of polluting the environment was written by three people.", "luganda": "Ekiwandiiko ekikwata ku kabi akali mu kwonoona obutonde bw'ensi kyawandiikibwa abantu basatu." }, { "english": "My parents named me after my late grandmother.", "luganda": "Bazadde bange banzibbulamu erinnya lya jjajja wange omukazi omugenzi." }, { "english": "She changed her name when she got married.", "luganda": "Yakyusa erinnya lye bwe yafumbirwa." }, { "english": "He teaches the students over the weekend.", "luganda": "Asomesa abayizi ku wiikendi." }, { "english": "My sister gave birth to her fourth child three weeks ago.", "luganda": "Mwannyinaze yazaala omwana we ow'okuna wiiki ssatu eziyise." }, { "english": "My mother took us to one of the best schools in this country.", "luganda": "Maama wange yatutwala mu limu ku masomero agasingayo obulungi mu ggwanga lino." }, { "english": "Our manager is a mother of three beautiful girls.", "luganda": "Manejja waffe maama w'abawala basatu abalabika obulungi." }, { "english": "My father does not have money to pay our school fees.", "luganda": "Kitange talina ssente za kutusasulira bisale by'essomero." }, { "english": "I graduated with a degree in engineering.", "luganda": "Nnattikirwa diiguli ya bwa yinginiya." }, { "english": "My husband lost his job three months ago.", "luganda": "Omwami wange yafiirwa omulimu gwe emyezi essatu egiyise." }, { "english": "Her son died of pneumonia.", "luganda": "Mutabini we yaffa obulwadde bw'ekiziiyiro." }, { "english": "My uncle passed away in a car accident yesterday.", "luganda": "Kojja yafiiridde mu kabenje k'emmotoka olunnaku lwa jjo." }, { "english": "The deceased had three children with his wife.", "luganda": "Omugenzi mukazi we yamulinamu abaana basatu." }, { "english": "She asked her friend for some money to buy food for her children.", "luganda": "Yasaba mukwano gwe ssente agulire abaana be emmere." }, { "english": "She does not argue with her brother anymore.", "luganda": "Yalekera awo okukaayana ne mwannyina." }, { "english": "Some people lost their jobs during the pandemic.", "luganda": "Abantu abamu baafiirwa emirimu gyabwe mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "She borrowed money to pay her husband's hospital bills.", "luganda": "Yeewola ssente okusasula ebbanja ly'eddwaliro olw'okujjanjaba omwami we." }, { "english": "He services his loan through monthly payments that are collected by the bank off his salary.", "luganda": "Ssente zeyeewola azisasula buli mwezi okuva ku ezo bbanka z'esala ku musaala gw'afuna buli mwezi." }, { "english": "I cannot save any money because I have many expenses to cater for.", "luganda": "Sisobola kuterekawo ssente yonna kubanga nnina ebintu bingi bye nsaasanyizaako ssente." }, { "english": "She requested her husband to give her more money because she didn't have enough for groceries.", "luganda": "Yasaba mwami we amwongere ku ssente kubanga ze yali alina zaali tezimala kugula bintu." }, { "english": "She borrowed money from her friends to pay her bank loan.", "luganda": "Yeewola ssente okuva ku mikwano gye okusobola okusasula ebbanja lya bbanka." }, { "english": "The teachers complained that the money they earn is not enough to support their families.", "luganda": "Abasomesa beemulugunya nti ssente ze bafuna tezibamala kulabirira ba mu maka gaabwe." }, { "english": "The children will not learn from their mistakes if you don't guide them.", "luganda": "Abaana tebasobola kuyigira ku nsobi zaabwe bw'otabawa bulagirizi." }, { "english": "Many people have battled against the virus and recovered.", "luganda": "Abantu bangi balwanyisizza akawuka era ne bawona." }, { "english": "Some of the locals are living in harsh conditions.", "luganda": "Abamu ku bantu b'omu kitundu bali mu mbeera mbi nnyo." }, { "english": "That man does not earn enough money to support his family.", "luganda": "Omusajja oyo ssente z'afuna tezimumala kulabirira ba mu maka ge." }, { "english": "Some families do not have food to eat during this lockdown.", "luganda": "Amaka agamu tegalina bya kulya mu kiseera kino eky'omuggalo." }, { "english": "I gave two street children two thousand Ugandan shillings to buy food.", "luganda": "Nnawa abaana babiri ab'oku nguudo sillingi enkumi bbiri mu za Uganda bagulemu emmere." }, { "english": "My father has retired from teaching after forty years.", "luganda": "Kitange awummudde omulimu gw'okusomesa oluvannyuma lw'emyaka amakumi ana." }, { "english": "I cannot wear this dress because the zip is broken.", "luganda": "Siyinza kwambala lugoye luno kubanga zipu nfu." }, { "english": "The doctors in public hospitals sometimes work for over twelve hours.", "luganda": "Abasawo mu malwaliro ga gavumenti aluusi bakola essaawa ezisukka mu kkumi na bbiri." }, { "english": "Agriculture has contributed to the growth of Uganda's national economy.", "luganda": "Eby'obulimi n'obulunzi bye bimu ku ebyo ebitumbudde eby'enfuna bya Uganda." }, { "english": "Teachers are among the least paid civil servants in our country.", "luganda": "Abasomesa be bamu ku bakozi abasinga okusasulwa ssente entono mu ggwanga lyaffe." }, { "english": "That department has been allocated more money than ours.", "luganda": "Ekitongole ekyo kiweereddwa ssente nnyingi okusinga ku kyaffe." }, { "english": "The doctor started a poultry business to make extra money.", "luganda": "Omusawo yatandikawo omulimu gw'okulunda enkoko asobole okufuna ssente eziwerako." }, { "english": "That company pays its employees little money.", "luganda": "Kampuni eyo esasula abakozi baayo ssente ntono." }, { "english": "Piggery is a good business for me to invest in.", "luganda": "Okulunda embizzi mulimu mulungi okuteekamu ssente." }, { "english": "Famine hit northern Uganda after the locust invasion.", "luganda": "Enjala yaggwa mu Mmambuka ga Uganda oluvannyuma lw'enzige okubazinda." }, { "english": "Our family feeds on the food we grow on our farm.", "luganda": "Ab'omu maka gaffe balya emmere gye tulima mu faamu yaffe." }, { "english": "She uses the little money she earns to feed her children.", "luganda": "Akozesa ssente entono z'afuna okuliisa abaana be." }, { "english": "The president has ordered the minister of health to increase the salaries of doctors in the country.", "luganda": "Pulesidenti alagidde minisita w'eby'obulamu okwongeza omusaala gw'abasawo mu ggwanga." }, { "english": "The company does not have money to pay employees' salaries.", "luganda": "Kampuni terina ssente za kusasula musaala gw'abakozi." }, { "english": "The government spent a lot of money buying insecticides to spray the locusts.", "luganda": "Gavumenti yakozesa ssente nnyingi nnyo okugula eddagala ly'okufuuyira enzige." }, { "english": "The company has allocated more money to increase our salaries.", "luganda": "Gavumenti ewaddeyo ssente endala okusobola okwongeza ku musaala gwaffe." }, { "english": "That organization helps teachers to save money for the future.", "luganda": "Ekibiina ekyo kiyamba abasomesa okutereka ssente ezinaabayamba mu biseera eby'omu maaso." }, { "english": "That man has been living off his pension since he retired from teaching five years ago.", "luganda": "Omusajja oyo abadde tafuna ssente ze eza pensoni bukya awummula omulimu gw'obusomesa emyaka ettaano egiyise." }, { "english": "The insurance company paid for the renovations when my house was destroyed in the fire.", "luganda": "Kampuni ya yinsuwa yasasula ssente ez'okudaabiriza ennyumba yange bwe yasaanyizibwawo omuliro." }, { "english": "He won the presidential elections because he had many supporters.", "luganda": "Yawangula akalulu k'obwa pulezidenti kubanga yalina abawagizi bangi." }, { "english": "She is a very influential woman in this country.", "luganda": "Mukazi mwattikirivu nnyo mu ggwanga lino." }, { "english": "The government has ordered the financial institutions to extend the loan repayment schedules due to the pandemic.", "luganda": "Gavumenti eragidde ebitongole ebikola ku by'ensimbi okwongezaayo ebbanga abeewola kwe balina okusasulirako amabanja gaabwe olw'ekirwadde." }, { "english": "The locals donated money to support teachers who lost their jobs during the lockdown.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu baawaayo ssente ez'okuyamba ku basomesa abaafiirwa emirimu gyabwe mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "The bank reduced the interest rate on business loans to get more clients.", "luganda": "Bbanka yakendeeza ku magoba kw'ewolera abasuubuzi ssente okusobola okufuna bakasitoma abalala." }, { "english": "Most people work hard so that they can feed their families.", "luganda": "Abantu abasinga obungi bakola nnyo basobole okuliisa ab'omu maka gaabwe." }, { "english": "She has been praying for a new job for two years.", "luganda": "Okumala emyaka ebiri abadde asabirira kufuna omulimu omupya." }, { "english": "The government has purchased land for the resettlement of the flood victims.", "luganda": "Gavumenti eguze ettaka kw'ennasengulira abantu abaakosebwa amataba." }, { "english": "Farmers in the district are counting losses after a prolonged dry spell.", "luganda": "Abalimu abali mu disitulikiti baafiirwa nnyo olw'ekyeya ekimaze ebbanga eddene." }, { "english": "Some parts of the country are experiencing famine.", "luganda": "Ebitundu ebimu eby'eggwanga birimu enjala." }, { "english": "My mother earns money from passion fruit farming.", "luganda": "Maama wange ssente azifuna mu kulima butunda." }, { "english": "He spends a lot of money on pesticides.", "luganda": "Asaasanya ssente nnyingi mu kugula eddala ly'okufuuyira ebiwuka." }, { "english": "The president issued a directive that motorcycles should not carry passengers during the lockdown.", "luganda": "Pulesidenti yawa ekiragiro nti abavuzi ba pikipiki tebasaanidde kusitula basabaze mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "All the crops in the area dried up due to drought.", "luganda": "Ebirime byonna mu kitundu byakala olw'ekyeya." }, { "english": "She resorted to piggery when she lost her job during the pandemic.", "luganda": "Yatandika okulunda embizzi bwe yafiirwa omulimu gwe mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "The yield of maize this season was very poor for most farmers.", "luganda": "Amakungula ga kasooli gabadde mabi nnyo mu sizoni eno eri abalimi abasinga obungi." }, { "english": "The flood was caused by heavy rain.", "luganda": "Enkuba ebadde effuddemba y'eviiriddeko amataba." }, { "english": "The area received a lot of sunshine last season.", "luganda": "Ekitundu kyalimu omusana mungi sizoni ewedde." }, { "english": "The locals said that this area is too dry for yam growing.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu baagamba nti ekitundu kino kikalu nnyo era tekisobola kulimibwamu mayuuni." }, { "english": "Many farmers lost their crops in the flood.", "luganda": "Abalimi bangi baafiirwa ebirime byabwe mu mataba." }, { "english": "There have been three landslides around this mountain in six months.", "luganda": "Mu myezi mukaaga wabaddewo okubumbulukuka kw'ettaka kwa mirundi esatu mu bitundu ebyetoolodde olusozi luno." }, { "english": "The authority responsible for wetlands has banned farming in swamps.", "luganda": "Ab'obuyinza abavunaanyizibwa ku ntobazi baganyi abantu okulimira mu bisenyi." }, { "english": "Every morning that girl bypasses the market while on her way to school.", "luganda": "Buli ku makya omuwala oyo ayita ku katale ng'agenda ku ssomero." }, { "english": "The meeting was chaired by the company manager.", "luganda": "Manejja wa kampuni ye yali ssentebe w'olukungaana." }, { "english": "The venue for the wedding ceremony has been changed because of the weather.", "luganda": "Ekifo awabadde aw'okubeera omukolo gw'embaga kikyusiddwa olw'embeera y'obudde." }, { "english": "Four government officials visited the refugee camp yesterday.", "luganda": "Olunaku lwa jjo abakungu ba gavumenti bana baakyalira ebifo by'abanoonyi b'obubudamo." }, { "english": "The government has discovered the actual cause of the landslides in this area.", "luganda": "Gavumenti ezzudde ekyo kyennyini ekiviirako okubumbulukuka kw'ettaka mu kitundu kino." }, { "english": "The heavy rain caused the three rivers to flood.", "luganda": "Enkuba effuddemba y'eviiriddeko emigga ena okwanjaala." }, { "english": "The district does not have enough money to support all the flood victims.", "luganda": "Disitulikiti terina ssente zimala okuyamba abo bonna abaakosebwa amataba." }, { "english": "The government has built a dam to prevent this river from flooding.", "luganda": "Gavumenti ezimbye ekiddiba ekinaakugira amazzi agava mu mugga guno okwanjaala." }, { "english": "That company lost property worth three hundred million Ugandan shillings in the floods.", "luganda": "Kampuni eyo effiiriddwa ebintu ebibalirwamu obukadde bisatu obwa ssente za Uganda mu mataba." }, { "english": "That land has been sold to a foreign investor.", "luganda": "Ettaka eryo liguziddwa omusigansimbi omugwiira." }, { "english": "The company that was hired to repair our road did substandard work.", "luganda": "Kampuni eyaweebwa ogw'okudaabiriza ekkubo lyaffe omulimu gwe yakola si gwa mutindo mulungi." }, { "english": "Our family had nowhere to go after our house had been destroyed in the flood.", "luganda": "Ab'omu maka gaffe tebaalina wa kulaga oluvannyuma lw'ennyumba yaffe okusanyizibwawo amataba." }, { "english": "The school council has ordered that the students who abuse school uniforms should be suspended.", "luganda": "Olukiiko olufuga essomero lwawa ekiragiro nti abayizi abatyoboola yunifoomu y'essomero basaanidde okugobwa." }, { "english": "The committee gave the district chairperson ten days to submit the details of those affected by the floods.", "luganda": "Olukiiko lwawa ssentebe wa disitulikiti ennaku kkumi okuwaayo kalonda yenna akwata ku abo abaakosebwa amataba." }, { "english": "The prime minister has donated ten million Ugandan shillings towards the victims of the landslide.", "luganda": "Ssabaminisita awaddeyo obukadde kkumi mu za Uganda eri abo abaakosebwa okubumbulukuka kw'ettaka." }, { "english": "The refugees ease themselves in nearby bushes because the camp does not have toilets.", "luganda": "Abanoonyi b'obubudamo beeyambira mu busiko obuli awo okumpi kubanga mu bifo gye babeera teriiyo byolooni." }, { "english": "Some of the locals lost their homes after the landslide.", "luganda": "Abantu abamu ab'omu kitundu baafiirwa amaka gaabwe oluvannyuma lw'okubumbulukuka kw'ettaka." }, { "english": "The soldiers threatened to beat anyone found leaving the camp.", "luganda": "Abasirikale baagamba nti bajja kukuba omuntu yenna anaasangibwa ng'avudde mu kifo gy'abeera." }, { "english": "There have been many robberies in this area.", "luganda": "Ekitundu kino kibaddemu ababbi bangi." }, { "english": "The victims of the floods are complaining that the government has neglected their need for safe shelter.", "luganda": "Abo abaakosebwa amataba beemulugunya nti gavumenti tefuddeyo ku bwetaavu bwabwe obw'okuba n'aw'okusula awalungi." }, { "english": "She complained that the village chairperson is considering only his relatives for the relief fund.", "luganda": "Yeemulugunya nti ssentebe w'ekyalo awa obuyambi ab'enganda ze bokka." }, { "english": "The locals requested the government representatives to visit the area that was affected by the flood.", "luganda": "Abantu b'omu kitundu baasaba ababaka ba gavumenti okukyalira ebitundu ebyakosebwa amataba." }, { "english": "She is a lawyer who fights for the rights of orphans and widows.", "luganda": "Akola nga munnamateeka alwanirira eddembe lya bamulekwa ne bannamwandu." }, { "english": "The president promised to give each of the victims of the floods one million Ugandan shillings.", "luganda": "Pulezidenti yasuubiza okuwa buli omu ku abo abaakosebwa amataba akakadde kamu ak'ensimbi za Uganda." }, { "english": "That team scored three goals during the match this afternoon.", "luganda": "Ttiimu eyo eteebye ggoolo ssatu mu muzannyo oguzannyiddwa leero olweggulo." }, { "english": "Their team is in the fourth position at the football league table.", "luganda": "Ttiimu yaabwe eri mu kifo kyakuna mu nsengeka ya liigi y'omupiira." }, { "english": "We have no hope of winning the championship title because we have lost six games.", "luganda": "Tetusuubira kuwangula eza bannantammegwa kubanga tufiiriddwa emizannyo mukaaga." }, { "english": "That team has the highest number of points in the international football league.", "luganda": "Ttiimu eyo y'esinga okuba n'obubonero obungi mu liigi y'omupiira ogw'ensi yonna." }, { "english": "My brother is sad because his favorite team lost the soccer match.", "luganda": "Muganda wange munnakuwavu kubanga ttiimu gy'asinga okwagala yawanguddwa mu mupiira." }, { "english": "The coach is worried that his team has not trained well for this game.", "luganda": "Omutendesi mweraliikirivu kubanga ttiimu ye teyeetegekedde bulungi omuzannyo guno." }, { "english": "That football club was founded over a hundred years ago.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira eyo yatandikibwawo emyaka egisukka mu kikkumi egiyise." }, { "english": "Our team scored five goals during the home and away game.", "luganda": "Ttiimu yaffe yateeba ggoolo ttaano kw'egyo egizannyirwa awaka n'ebweru." }, { "english": "She passed the ball to her teammate who scored the winning goal.", "luganda": "Yaweereza muzannyi munne akapiira era n'ateeba goolo eyabaviirako okuwangula." }, { "english": "My mother is hosting a party for her friends at our home.", "luganda": "Maama wange akoledde mikwano gye akabaga ewaffe." }, { "english": "That team lost the match last Saturday.", "luganda": "Ttiimu eyo yawangulwa ku Lwomukaaga oluyise." }, { "english": "He is wrestling against one of the biggest men I have ever seen.", "luganda": "Akutte ekiggwo omu ku basajja abasingayo obunene be nnali ndabye." }, { "english": "He is one of the best football players in this country.", "luganda": "Y'omu ku bazannyi b'omupiira abasingayo obulungi mu ggwanga lino." }, { "english": "We scored six goals during the match yesterday.", "luganda": "Twateebye ggoolo mukaaga mu muzannyo ogwazannyiddwa olunaku lwa jjo." }, { "english": "The coach encouraged me to train harder if I want to win the national marathon.", "luganda": "Omutendesi yankubirizza okwetendeka ennyo bwe mba nga njagala okuwangula emisinde gy'eggwanga." }, { "english": "Our netball team has qualified for the interschool finals.", "luganda": "Ttiimu yaffe ey'okubaka eyiseewo okuzannya egy'akamalirizo egy'amasomero." }, { "english": "We hope to win the football match today.", "luganda": "Leero tusuubira okuwangula omuzannyo gw'omupiira." }, { "english": "I will wash the dishes after lunch.", "luganda": "Ebintu njakubyoza nga tumaze okulya eky'emisana." }, { "english": "The deceased was praised for his good work while in the army.", "luganda": "Omugenzi yatenderezeddwa olw'emirimu emirungi gye yakola ng'ali mu maggye." }, { "english": "The president encouraged the mourners at the funeral to remain strong.", "luganda": "Pulezidenti yakubiriza abakungubazi ku lumbe okuba abagumu." }, { "english": "The deceased will be buried in his ancestral village.", "luganda": "Omugenzi ajja kuziikibwa mu kyalo kyabwe." }, { "english": "The vehicle carrying the coffin was behind the ambulance.", "luganda": "Emmotoka eyali esitudde keesi y'omulambo yali mabega wa ambyuleensi." }, { "english": "Our son broke down in tears when he learned about the death of his mother.", "luganda": "Mutabani waffe yatulika n'akaaba bwe yamanya nti maama we yali afudde." }, { "english": "There are rumors that his father has coronavirus.", "luganda": "Waliwo engambo eziyitingana nti taata we alina ekirwadde kya korona." }, { "english": "No news reporters are allowed to enter that hospital.", "luganda": "Tewali munnamawuliire akkirizibwa kuyingira mu ddwaliro eryo." }, { "english": "Her family confirmed that she passed away peacefully in her sleep.", "luganda": "Ab'omu maka ge baakikakasa nti yafa kasirise nga yeebase." }, { "english": "The deceased had been battling malaria for three weeks.", "luganda": "Omugenzi abadde n'obulwadde bw'omusujja okumala wiiki ssatu." }, { "english": "Most of the young soldiers look up to him.", "luganda": "Abasirikale bangi abakyali abato beesizze ye." }, { "english": "The soldier saved his colleague from the rebels during the war.", "luganda": "Omusirikale yawonya munne okuva ku bayeekera mu kiseera ky'olutalo." }, { "english": "He fought for the rights of the less privileged in this area.", "luganda": "Yalwanirira eddembe ly'abo abateesobola mu kitundu kino." }, { "english": "That general is famous around this village.", "luganda": "Genero oyo amanyiddwa nnyo mu kitundu kino." }, { "english": "We have been friends for over ten years.", "luganda": "Tubadde ba mikwano okumala emyaka egisukka mu kkumi." }, { "english": "My father inspired me to be a doctor.", "luganda": "Taata wange ye yanjagazisa okuba omusawo." }, { "english": "He sells his trees to lumber companies.", "luganda": "Emiti gye agiguza kampuni y'embaawo." }, { "english": "She has planted trees in the land her father left her.", "luganda": "Asimbye emiti ku ttaka kitaawe lye yamulekera." }, { "english": "That forest was named after my grandfather.", "luganda": "Ekibira ekyo bakibbulamu erinnya lya jjajjange omusajja." }, { "english": "The deceased was praised for passionately caring about this nation.", "luganda": "Omugenzi atenderezeddwa olw'okufaayo ennyo ku ggwanga lino." }, { "english": "The ambulance rushed the accident victims to the hospital.", "luganda": "Ambyuleensi yaddusa mu ddwaliro abo abaafuna akabenje." }, { "english": "My son studies at a nearby school.", "luganda": "Mutabani wange asomera mu ssomero ery'okumuliraano." }, { "english": "My brother has joined the army.", "luganda": "Muganda wange ayingidde amaggye." }, { "english": "The tour guide was good at reading maps.", "luganda": "Oyo alambuza abalambuzi yali amanyi bulungi okusoma mmaapu." }, { "english": "My father drives the army tanks.", "luganda": "Taata wange avuga ttanka y'amaggye." }, { "english": "The whole city is under attack from the rebels.", "luganda": "Ekyalo kyonna kirumbiddwa abayeekera." }, { "english": "The soldier was captured by the rebels during his scout duty.", "luganda": "Omujaasi yawambibwa abayeekera ng'ali ku mulimu gwe ogw'obukeesi." }, { "english": "Ten of the prisoners were returned to the country today.", "luganda": "Abasibe kkumi ku bo bakomezeddwawo mu ggwanga leero." }, { "english": "She was transferred to another prison because the other inmates wanted to kill her.", "luganda": "Yatwalibwa mu kkomera eddala kubanga abasibe abalala baali baagala kumutta." }, { "english": "He is the first prisoner to be released this morning.", "luganda": "Ye musibe asoose okuteebwa ku makaya kuno." }, { "english": "The rebels captured and killed my elder brother.", "luganda": "Abayeekera baawamba era ne batta muganda wange omukulu." }, { "english": "He joined the rebels to get access to firearms.", "luganda": "Yeegatta ku bayeekera asobole okufuna eby'okulwanyisa." }, { "english": "The rebels overthrew the government two weeks ago.", "luganda": "Abayeekera baawamba gavumenti wiiki bbiri emabega." }, { "english": "The general commanded his soldiers to return to the barracks.", "luganda": "Genero yalagira abasirikale be okuddayo mu nkambi." }, { "english": "My brother had to get two jobs to make enough money for tuition.", "luganda": "Muganda wange yalina okufuna emirimu ebiri asobole okufuna ssente ezimala okusasula ebisale by'esomero." }, { "english": "My father is one of the soldiers who will be retiring this year.", "luganda": "Taata wange y'omu ku bajaasi abajja okuwummuzibwa omwaka guno." }, { "english": "My sister quit her job two days ago.", "luganda": "Mwannyinaze yalekulira omulimu ggwe ennaku bbiri eziyise." }, { "english": "The soldiers signed a five-year contract with the army.", "luganda": "Abajaasi bassa omukono ku kontulakita gye baakola n'amaggye era nga ya myaka ettaano." }, { "english": "He grows pineapples on one of his farms.", "luganda": "Alima nnanaansi mu emu ku faamu ze." }, { "english": "She wrote a story about the president's childhood.", "luganda": "Yawandiika ebyafaayo ebikwata ku biseera eby'obuto bwa pulezidenti." }, { "english": "The donation was handed over to the district Member of Parliament this morning.", "luganda": "Ebyaweebwayo byakwasiddwa omubaka wa palamenti mu disitulikiti ku makya ga leero." }, { "english": "She urgently needs money for her children's school fees.", "luganda": "Ali mu bwetaavu bwa maanyi obw'okufunira abaana be ebisale by'essomero." }, { "english": "The doctors are worried that there is no known cure for this disease.", "luganda": "Abasawo beeraliikirivu nti tewaliiwo ddagala limanyiddwa lisobola kuwonya kirwadde kino." }, { "english": "The minister was standing on the right side of the ambassador in the picture.", "luganda": "Mu kifaananyi minisita yali ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa ambasadda." }, { "english": "The venue for the meeting will be communicated later in the day.", "luganda": "Eddako leero mujja kutegeezebwa ekifo awanaabeera olukungaana." }, { "english": "He has a picture of his late mother in his wallet.", "luganda": "Alina ekifaananyi kya nnyina omugenzi mu kasawo ke." }, { "english": "The ambassador handed over the cheque to the minister this morning.", "luganda": "Ambasadda yawadde minisita kyeeke ku makya leero." }, { "english": "The certificate issuing ceremony was held at the ministry offices.", "luganda": "Omukolo ogw'okugaba satifikeeti gwabadde mu ofiisi y'ekitongole." }, { "english": "There was a photograph of our teacher in the newspaper today.", "luganda": "Mu mawulire ga leero mubaddemu ekifaananyi ky'omusomesa waffe." }, { "english": "The district is training a team of fifty youth on how to spray locusts.", "luganda": "Disitulikiti eri mu kutendeka ekibinja ky'abavubuka amakumi attaano abanaafuyira enzige." }, { "english": "The government is fundraising money to buy insecticides.", "luganda": "Gavumenti eri mu kusonda ssente ez'okugula eddagala ly'okufuuyira obuwuka." }, { "english": "He donated food to the farmers whose crops were destroyed by the locusts.", "luganda": "Yawa emmere abalimi enzige be zaayonoonera ebirime byabwe." }, { "english": "She hung pictures of her children all over the house.", "luganda": "Yattimba ebifaananyi by'abaana be mu nnyumba yonna." }, { "english": "That organization provides free food for the famine victims.", "luganda": "Ekibiina ekyo kigabira emmere abantu abakoseddwa enjala." }, { "english": "She donated school books to the orphans in her village.", "luganda": "Yagabira bamulekwa mu kyalo kye ebitabo." }, { "english": "The wind blew the locusts towards our farm.", "luganda": "Empewo yafuuwa enzige n'ezizza mu faamu yaffe." }, { "english": "The desert locusts reproduce faster in a warm climate.", "luganda": "Enzige zizaala mangu nnyo mu budde obw'ebbugumu." }, { "english": "Our neighbors bought insecticide to spray the swarm of bees.", "luganda": "Baliraanwa baffe baagula eddagala ly'okufuuyira enjuki." }, { "english": "She requested the local council to use the donations to buy vehicles for the locust task force.", "luganda": "Yasaba akakiiko k'ekyalo okukozesa ssente ezaabaweebwa bagule emmotoka ezinaakozesebwa abagenda okulwanyisa enzige." }, { "english": "She took photographs at the presidential handover ceremony.", "luganda": "Yakuba ebifaananyi ku mukolo gw'okuwaayo ogwakolebwa pulezidenti." }, { "english": "The government needs money to buy agricultural equipment for the district teams.", "luganda": "Gavumenti yeetaaga ssente ez'okugulira ttiimu y'oku disitulikiti ebintu ebikozesebwa mu kulima n'okulunda." }, { "english": "The desert locusts have eaten all the leaves on our crops.", "luganda": "Enzige ziridde ebikoola ku birime byaffe byonna." }, { "english": "I have renewed my contract with the company.", "luganda": "Nzizizza bugya kontulakiti yange ne kampuni." }, { "english": "She took over a hundred pictures at the wedding ceremony.", "luganda": "Yakuba ebifaananyi ebisukka mu kikumi ku mbaga." }, { "english": "In the picture there was a mountain behind the river.", "luganda": "Mu kifaananyi olusozi lwali mabega w'omugga." }, { "english": "The rebels have attacked this village two times.", "luganda": "Abayeera balumbye ekyalo kino emirundi ebiri." }, { "english": "The government used helicopters to spray insecticides to stop the spread of the locusts.", "luganda": "Gavumenti yakozesa ennyonyi okufuuyira enzige zireme kusaasanira bitundu birala." }, { "english": "There is a swarm of bees near that house.", "luganda": "Waliwo ebinja ky'enjuki okumpi n'ennyumba eyo." }, { "english": "That organization has over two thousand employees worldwide.", "luganda": "Ekibiina ekyo kirina abakozi abasukka mu nkumi bbiri mu nsi yonna." }, { "english": "My neighbor passed away yesterday.", "luganda": "Muliraanwa wange yafudde olunnaku lwa jjo." }, { "english": "The protesters requested the government to open the market for business.", "luganda": "Abeekalakaasi baasabye gavumenti eggulewo akatale basobole okukola bizineensi." }, { "english": "Her sister was shot in the chest.", "luganda": "Muganda we yakubwa amasasi mu kifuba." }, { "english": "My son was shocked to death by electricity.", "luganda": "Mutabani wange yakubwa amasanyaleze n'afa." }, { "english": "The three children died of food poisoning.", "luganda": "Abaana abasatu baafa olw'emmere eyalimu obutwa." }, { "english": "My brother is among the protesters who were arrested.", "luganda": "Muganda wange y'omu ku beekalakaasi abaakwatiddwa." }, { "english": "There was a riot in the city this morning.", "luganda": "Ku makya leero mu kibuga wabaddeyo okwekalakaasa." }, { "english": "Some of the vendors accused the local leaders of stealing their money through high taxes.", "luganda": "Abamu ku basuubuzi balumiriza nti abakulembeze baabwe bababba ssente okuyitira mu kubagerekera emisolo egya waggulu." }, { "english": "That school was demolished to build a hospital.", "luganda": "Essomero eryo lyamenyebwa basobole okuzimbawo eddwaliro." }, { "english": "The market was closed for renovations two months ago.", "luganda": "Akatale kaggalwawo emyezi ebiri egiyise kasobole okudaabirizibwa." }, { "english": "Some of the vendors do not sweep around their stalls.", "luganda": "Abamu ku basuubuzi tebeera we bakolera." }, { "english": "Her husband succumbed to coronavirus last week.", "luganda": "Omwami we yafa ekirwadde kya korona wiiki ewedde." }, { "english": "The government has released money to buy food for the people who were affected by the floods.", "luganda": "Gavumenti ewaddeyo ssente ezookugulira abantu emmere abaakosebwa amataba." }, { "english": "The government has banned groups of more than twenty people to prevent the spread of coronavirus.", "luganda": "Okusobola okutangira okusaasana kw'ekirwadde kya korona gavementi eweze abantu okukungaana awamu nga basukka amakumi abiri." }, { "english": "The news agency reports about events happening all over the world.", "luganda": "Amawulire googera ku ebyo ebiba bibaddewo okwetooloola ensi yonna." }, { "english": "My brother died in prison yesterday.", "luganda": "Muganda wange yafiiridde mu kkomera olunaku lwa jjo." }, { "english": "The protesters are fighting for justice for the man who was killed by a police officer.", "luganda": "Abeekalakaasi balwanirira wabeewo obwenkanya ku lw'omusajja eyattibwa owa poliisi." }, { "english": "My mother was buried in a white coffin.", "luganda": "Maama wange yaziikibwa mu ssanduuko enjeru." }, { "english": "That photograph was taken fifty years ago.", "luganda": "Ekifaananyi ekyo kyakubibwa emyaka amakumi ataano egiyise." }, { "english": "The government has appointed a committee to fight corruption.", "luganda": "Gavumenti ettaddewo akakiiko akanaalwanyisa obuli bw'enguzi." }, { "english": "I lied to my parents that my little brother spoilt the radio so that they wouldn't punish me.", "luganda": "Nnalimba bazadde bange nti kaganda kange akato ke kayonoona leediyo nze baleme kumbonereza." }, { "english": "She carried a picture of her late husband during the riot.", "luganda": "Mu kwekalakaasa yalina ekifaananyi kya bbaawe omugenzi." }, { "english": "Some politicians do not care about the well-being of their voters.", "luganda": "Bannabyabufuzi abamu tebafaayo ku mbeera z'abalonzi baabwe." }, { "english": "The priest has condemned the police for using force against peaceful protesters.", "luganda": "Bisoopu anenyezza poliisi olw'okukozesa eryannyi ku beekalakaasi ababadde ab'emirembe." }, { "english": "Some government officials have been accused of corruption.", "luganda": "Abakungu ba gavumenti abamu balumirizibwa okuba abali b'enguzi." }, { "english": "My husband stood with me during my father's funeral.", "luganda": "Omwami wange yali nnange mu kuziika kitange." }, { "english": "My son took a picture of me while I was cooking.", "luganda": "Mutabani wange yankuba ekifaananyi nga nfumba." }, { "english": "Many people attended my mother's funeral yesterday.", "luganda": "Abantu bangi baabaddewo jjo mu kuziika maama wange." }, { "english": "He pledged five million Ugandan shillings to support the family of the deceased.", "luganda": "Yeetema okuwaayo obukadde butaano obw'ensimbi za Uganda ziyambe ab'omu maka g'omugenzi." }, { "english": "The priest preached about forgiveness during today's service.", "luganda": "Mu kusaba kwa leero omubuulizi yayigiriza ku kusonyiwa." }, { "english": "The president should follow up on the issue of corruption with more vigor.", "luganda": "Pulezidenti asaanidde okussaamu amaanyi mu kulondoola ensonga ekwata ku buli bw'enguzi." }, { "english": "Everyone has a right to live.", "luganda": "Buli omu alina eddembe okuba omulamu." }, { "english": "The teachers have encouraged us to read hard for the national examinations.", "luganda": "Abasomesa batukubirizza okusoma ennyo nga twetegekera ebigezo by'eggwanga lyonna." }, { "english": "Some soldiers think that they cannot be arrested for their crimes.", "luganda": "Abajaasi abamu balowooza nti tebasobola kukwatibwa olw'emisango gye baba bazizza." }, { "english": "The protesters insisted that the police officer shot that man dead because of his skin color.", "luganda": "Abeekalakaasi baalemerako nga bagamba nti owa poliisi yakuba omusajja amasasi olwa langi ye." }, { "english": "The deceased was buried next to his mother.", "luganda": "Omugenzi yaziikibwa okumpi ne nnyina." }, { "english": "She took a photograph of the newlyweds.", "luganda": "Yakuba ebifaananyi by'abo abaali baakafumbiriganwa." }, { "english": "Fighting the coronavirus will also solve the problem of poverty among the locals.", "luganda": "Okulwanyisa ekirwadde kya korona era kijja kugonjoola ekizibu ky'obwavu eky'abantu baffe." }, { "english": "That knife is sharp enough to penetrate your skin.", "luganda": "Akaso ako koogi nnyo kasobola okukusala." }, { "english": "We have not made any money because the company has not been operating during the lockdown.", "luganda": "Tetulina ssente ze tukoze kubanga kampuni ebadde tekola mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "None of the employees was forced to take a pay cut.", "luganda": "Tewali n'omu ku bakozi yawalirizibwa okusalibwako omusaala." }, { "english": "The football club has signed new players for this season.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira ewandiise abazannyi abapya mu sizoni eno." }, { "english": "The company has postponed salary payments because there is no money.", "luganda": "Kampuni eyongezezaayo okusasula emisaala kubanga tewaliiwo ssente." }, { "english": "We collected money to support my friend's family when they lost their father.", "luganda": "Twakungaanya ssente okuyamba ab'omu makka ga mukwano gwange bwe baafiirwa kitaabwe." }, { "english": "The company has made a big loss this year.", "luganda": "Kampuni efiiriddwa ssente nnyingi omwaka guno." }, { "english": "My brother has signed a four-year contract with the national football team.", "luganda": "Muganda wange atadde omukono ku kontulakita ya myaka ena ne ttiimu y'eggwanga ey'omupiira." }, { "english": "The basketball game will start at midday.", "luganda": "Omuzannyo gw'omupiira ogw'ensero gujja kutandika ku ssaawa mukaaga ez'omu ttuntu." }, { "english": "That team won the international football championship title.", "luganda": "Ttiimu eyo yawangula omupiira gw'ensi yonna ogwa bannantammegwa." }, { "english": "The match was shifted to another stadium because the fans were more than we expected.", "luganda": "Omuzannyo gwakyusibwa ne gutwalibwa mu kisaawe ekirala kubanga abawagizi baali bangi nnyo okusinga nga bwe twali tusuubidde." }, { "english": "The football game might be canceled because of this heavy rain.", "luganda": "Omuzannyo gw'omupiira guyinza okusazibwamu olw'enkuba effuddemba." }, { "english": "The committee has representatives from all the villages in the district.", "luganda": "Akakiiko kalimu abakiise okuva mu byalo byonna mu disitulikiti." }, { "english": "Fans will not be allowed to enter the stadium during the match.", "luganda": "Abawagizi tebajja kukkirizibwa kuyingira mu kisaawe ng'omuzannyo gugenda mu maaso." }, { "english": "The match has been postponed because one of the team managers tested positive this morning.", "luganda": "Omuzannyo gwongezeddwayo kubanga omu ku bamanejja asangiddwamu ekirwadde ku makya kuno." }, { "english": "He arrived ten minutes late for the physical training.", "luganda": "Yatuuka mu kutendekebwa nga kuyiseeko eddakiika kkumi." }, { "english": "All the football players were tested for coronavirus two days ago.", "luganda": "Abazannyi b'omupiira bonna baakeberwa ekirwadde kya korona ennaku bbiri eziyise." }, { "english": "My son's malaria test was negative.", "luganda": "Mutabani wange baamukebera ne batamuzuulamu musujja." }, { "english": "The team captain is in quarantine because he tested positive for coronavirus.", "luganda": "Kapiteni w'omupiira ali mu kalantiini kubanga yasangibwamu ekirwadde kya korona." }, { "english": "Sports activities were suspended for three months because of the pandemic.", "luganda": "Eby'emizannyo byayimirizibwa okumala emyezi esatu olw'ekirwadde." }, { "english": "That team will join the losers' league if they do not win this game.", "luganda": "Ttiimu eyo bw'etawangula muzannyo guno ejja kuzannya ogw'abaalemererwa okuyitawo." }, { "english": "My brother wrote a report about his visit to the landing site.", "luganda": "Muganda wange yawandiika alipoota ekwata ku kukyala kwabwe ku mwalo." }, { "english": "The lockdown reduced the spread of coronavirus among the locals.", "luganda": "Omuggalo gwakendeeza okusaasana kw'ekirwadde kya korona mu bantu." }, { "english": "The number of coronavirus cases in the country has reduced.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu abakwatibwa ekirwadde kya korona mu ggwanga gukendedde." }, { "english": "Two truck drivers tested positive for coronavirus at the border.", "luganda": "Abavuzi ba loole babiri baasangiddwamu ekirwadde kya korona ku nsalo." }, { "english": "The truck he was driving was delivering bricks to that construction site.", "luganda": "Loole gye yali avuga yali etwala matoffaali mu kifo ekyo we baali bazimba." }, { "english": "Uganda Revenue Authority advertised job opportunities in the newspapers.", "luganda": "Ekitongole kya Uganda Revenue Authority kyalanga emirimu mu mawulire." }, { "english": "The Electoral Commission is recruiting polling assistants in Kampala district.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'okulonda kinoonya abanaakiyambako mu mirimu gyakyo mu disitulikiti y'e Kampala." }, { "english": "There is a lot of traffic jam at Namirembe road.", "luganda": "Oluguudo lw'e Namirembe luliko akalippagano k'ebidduka kangi." }, { "english": "He is the best music artist in Uganda.", "luganda": "Ye muyimbi asinga mu Uganda." }, { "english": "One of the mourners pledged to pay school fees for the orphans.", "luganda": "Omu ku bakungubazi yeeyama okusasulira bamulekwa fiizi z'essomero." }, { "english": "A trading license is obtained at one hundred thousand Uganda shillings.", "luganda": "Layisinsi ekkiriza omuntu okukola bizineensi ya mitwalo kkumi." }, { "english": "The company intends to recruit more employees in the marketing department.", "luganda": "Kampuni eyagala kwongera ku bakozi abali mu kitongole ekitunzi." }, { "english": "The United States of America has the most developed economy in the world.", "luganda": "Amerika y'esingayo okuba n'enkulaakulana mu by'enfuna mu nsi yonna." }, { "english": "The Ministry of Education bought laboratory equipment for government schools.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'enjigiriza kyagulira amasomero ga gavumenti ebintu eby'okukozesa mu labalatole." }, { "english": "Some teachers do not know how to pronounce his name.", "luganda": "Abasomesa abamu tebamanyi ngeri ya kwatulamu linnya lye." }, { "english": "Names help people to understand their family background in society.", "luganda": "Amannya gayamba abantu okumanya abantu be balinako oluganda." }, { "english": "Ministry of Health has distributed over five thousand mosquito nets in Eastern Uganda.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulamu kigabye obutimba bw'ensiri obusukka mu nkumi ttaano mu bitundu by'omu Buvanjuba bwa Uganda." }, { "english": "The Ministry of Health has provided drugs to people affected by the Ebola virus.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulamu kiwadde eddagala abantu abakoseddwa ekirwadde kya Ebola." }, { "english": "Children should be fed well to avoid malnutrition.", "luganda": "Abaana balina okuliisibwa obulungi baleme kukoozimba." }, { "english": "He was one of the country's prime ministers.", "luganda": "Yaliko ssaabaminisita w'eggwanga." }, { "english": "Some private schools demand a lot of money from parents.", "luganda": "Amasomero agamu ag'obwannanyini gasaba abazadde ssente nnyingi." }, { "english": "Some motorists do not respect traffic lights.", "luganda": "Abavuzi ba pikipiki abamu tebagoberera bitaala eby'oku nguudo." }, { "english": "Taxis were allowed to carry only seven people during the coronavirus pandemic.", "luganda": "Takisi zakkirizibwa kutwala abantu musanvu bokka mu kiseera ky'ekirwadde kya korona." }, { "english": "Some people lack funds to facilitate their education.", "luganda": "Abantu abamu tebalina ssente za kusasulira misomo gyabwe." }, { "english": "He has played football since the age of eight.", "luganda": "Abadde azannya omupiira okuva nga wa myaka munaana." }, { "english": "Some companies reduced the salaries of employees by fifty percent during the lockdown.", "luganda": "Mu kiseera ky'omuggalo kampuni ezimu zaakendeeza emisaala gy'abakozi ebitundu ataano ku buli kikumi." }, { "english": "He scored the best goal of the German football league this season.", "luganda": "Yateeba goola eyasingayo okunyuma mu liigi ya Bugirimaani sizoni eno." }, { "english": "The city council intends to construct more roads in Kampala district.", "luganda": "Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga kiteekateeka okwongera okuzimba enguudo mu disitulikiti y'e Kampala." }, { "english": "The best teams in the German football league played against each other on Saturday.", "luganda": "Tiimu z'omupiira ezisingayo amaanyi mu liigi ya Bugirimaani zaasisinkanye mu luzannya olwabaddewo ku Lwomukaaga." }, { "english": "He plays for the best football club in the world.", "luganda": "Azannyira kiraabu y'omupiira esingayo obulungi mu nsi." }, { "english": "The best football player in the world cup scored three goals in one match.", "luganda": "Omuzannyi asingayo obulungi mu kikopo ky'ensi yonna yateebye ggoolo ssatu mu mupiira gumu." }, { "english": "The football fans were not happy with the referee's decisions during the match.", "luganda": "Abawagizi b'omupiira tebaasanyukidde nnamula ya ddiifiri ng'omupiira gugenda mu maaso." }, { "english": "Schools will reopen after all teachers have been vaccinated against the coronavirus disease.", "luganda": "Amasomero gajja kuggulwawo ng'abasomesa bonna bamaze okugemwa ekirwadde kya corona." }, { "english": "Some people cannot afford tuition fees at the university.", "luganda": "Abantu abamu tebasobola kusasula bisale bya yunivasite." }, { "english": "He is one of the richest golfers in the world.", "luganda": "Y'omu ku bazannyi ba goofu abasingayo obugagga mu nsi." }, { "english": "Football fans will watch the English Premier League matches from home.", "luganda": "Abawagizi emipiira gya liigi ya Bungereza bajja kugirabira waka." }, { "english": "Meat is a source of calcium for the body.", "luganda": "Ennyama eyamba omubiri okufuna ekirungo kya calcium." }, { "english": "Music artists make most of their money through concerts and performances.", "luganda": "Abayimbi ssente zaabwe ezisinga bazikola mu bivulu." }, { "english": "The Ministry of Health aims at providing cheap Medicare for people in rural areas.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulamu kirina ekiruubirirwa eky'okuyamba abantu b'omu byalo okufuna obujjanjabi ku ssente entono ddala." }, { "english": "Some hospitals in the country lack intensive care unit services.", "luganda": "Amalwaliro agamu mu ggwanga tegalina busobozi bwa kukola ku balwadde abayi ennyo." }, { "english": "People should service their cars regularly.", "luganda": "Abantu balina okudaabiriza emmotoka zaabwe obutayosa." }, { "english": "Some people thanked God after surviving the accident.", "luganda": "Abantu abamu beebazizza Katonda oluvannyuma lw'okuwona akabenje." }, { "english": "The Ministry of Health should follow up with truck drivers.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulamu kirina okulondoola abavuzi ba biroole." }, { "english": "People should distance themselves from others to prevent the spread of coronavirus.", "luganda": "Abantu balina okwewa amabanga okwewala okusaasaana kw'ekirwadde kya corona." }, { "english": "Americans were the first people to reach out to the moon.", "luganda": "Abamerika be bantu abaasooka okutuuka ku mwezi." }, { "english": "That country is surrounded by water.", "luganda": "Ensi eyo yeetooloddwa amazzi." }, { "english": "The government constructed ten football stadiums in different parts of the country.", "luganda": "Gavumenti yazimba ebisaawe by'omupiira kkumi mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu." }, { "english": "Agriculture is a source of employment for the people.", "luganda": "Eby'obulimi biwa abantu emirimu." }, { "english": "Temperature is measured in degrees.", "luganda": "Ebbugumu lipimibwa mu ddiguli." }, { "english": "The nervous system helps the brain to communicate with other parts of the body.", "luganda": "Obusimu bw'omubiri busobozesa obwongo okuwuliziganya n'ebitundu by'omubiri ebirala." }, { "english": "Uganda exploits natural resources to boost its economy.", "luganda": "Uganda ekozesa ebintu ebiri mu butonde okutumbula eby'enfuna byayo." }, { "english": "Some teachers have inappropriate relationships with students.", "luganda": "Abasomesa abamu balina enkolagana etesaana n'abayizi." }, { "english": "Teachers punish students who do not speak English at school.", "luganda": "Abasomesa babonereza abaana abatoogera Lungereza ku ssomero." }, { "english": "The school football team won the Copa Coca Cola championship.", "luganda": "Ttiimu y'essomero ey'omupiira yawangudde empaka za Copa Coca Cola championship." }, { "english": "The government provides free land to foreign investors.", "luganda": "Bayinvesita abagwiira gavumenti ebawa ettaka lya bwereere." }, { "english": "Politicians should respect the Constitution.", "luganda": "Bannabyabufuzi balina okussa ekitiibwa mu ssemateeka." }, { "english": "The president warned security forces to stop helping criminals.", "luganda": "Pulezidenti yalabula abakuuma ddembe baleme kuyamba bamenyi ba mateeka." }, { "english": "Fathers should provide for their families.", "luganda": "Bataata balina okulabirira ab'omu maka gaabwe." }, { "english": "The headmaster has four children.", "luganda": "Omukulu w'essomero alina abaana bana." }, { "english": "Our teacher succumbed to coronavirus.", "luganda": "Omusomesa waffe ekirwadde kya corona kyamutta." }, { "english": "The doctor has twenty children in eight women.", "luganda": "Omusawo alina abaana abiri mu bakazi munaana." }, { "english": "The presidential election in Burundi was rigged.", "luganda": "Okulonda kw'obwa pulezidenti mu Burundi kwalimu okubba obululu." }, { "english": "People should sanitize and wash their hands regularly.", "luganda": "Abantu basaanidde okukozesa sanitayiza n'okunaaba mu ngalo buli kiseera." }, { "english": "The government intends to vaccinate twenty-two million Ugandans.", "luganda": "Gavumenti erina ekiruubirirwa eky'okugema Bannayuganda obukadde abiri mu bubiri." }, { "english": "Some people lack food to eat in the lockdown.", "luganda": "Abantu abamu tebalina mmere ya kulya mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "The police enforced coronavirus guidelines during the lockdown.", "luganda": "Poliisi yafuba okulaba nti abantu bagondera ebiragiro ebikwata ku kirwadde kya corona mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "The police keeps law and order in the society.", "luganda": "Poliisi ekuuma emirembe n'obutebenkevu mu bantu." }, { "english": "The organization monitors flights across the country.", "luganda": "Ekibiina kirondoola entambula y'ennyonyi mu ggwanga." }, { "english": "The policeman proposed to his girlfriend in front of very many people.", "luganda": "Omusirikale yasabye muganzi we akkirize okumufumbirwa mu maaso g'abantu bangi." }, { "english": "Some men cheat on their wives.", "luganda": "Abasajja abamu bayenda." }, { "english": "The Ministry of Education and Sports has encouraged vocational training.", "luganda": "Minisitule y'eby'enjigiriza n'eby'emizannyo ekubiriza abantu okusoma eby'emikono." }, { "english": "The government intends to widen some roads in Wakiso district.", "luganda": "Gavumenti eyagala okugaziya enguudo ezimu mu disitulikiti y'e Wakiso." }, { "english": "Most boxing clubs in Uganda have registered for the tournament.", "luganda": "Kiraabu z'ebikonde ezisinga obungi mu Uganda zeewandiisizza okwetaba mu mpaka." }, { "english": "The primary seven girl who was found pregnant has been expelled from school.", "luganda": "Omuwala ow'ekibiina eky'omusanvu eyasangiddwa ng'alina olubuto baamugobye ku ssomero." }, { "english": "Golf is one of the most competitive sports in the world.", "luganda": "Omuzannyo gwa goofu gwe gumu ku mizannyo egisinga okubaamu okuvuganya mu nsi." }, { "english": "The lack of enough golf facilities hinders the development of the sport in Uganda.", "luganda": "Okuba nti mu Uganda temuli bikozesebwa bimala mu muzannyo gwa goofu kiremesa omuzannyo ogwo okukulaakulana mu ggwanga." }, { "english": "Each golf team has to register with two hundred thousand Ugandan shillings.", "luganda": "Buli ttiimu ya goofu eba yeetaaga emitwalo abiri okwewandiisa." }, { "english": "People infected with coronavirus are quarantined for fourteen days.", "luganda": "Abantu abakwatibwa ekirwadde kya corona baawulibwa ku balala okumala ennaku kkumi na nnya." }, { "english": "The sports association gives annual awards to the best sportsmen in the country.", "luganda": "Buli mwaka ekibiina ky'eby'emizannyo kiwa awaadi abazannyi abasinze mu ggwanga." }, { "english": "That teacher has a passion for sports and politics.", "luganda": "Omusomesa oyo ayagala nnyo eby'emizannyo n'eby'obufuzi." }, { "english": "Rich people take their children to the best schools in the country.", "luganda": "Abantu abagagga batwala abaana baabwe mu masomero agasingayo obulungi mu ggwanga." }, { "english": "Children from that family resemble each other.", "luganda": "Abaana b'omu maka ago bafaanagana." }, { "english": "The internet facilitates online education.", "luganda": "Yintaneeti eyamba mu kusomera ku mutimbagano." }, { "english": "The football team generated more revenue after winning the English premier league cup.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira yafuna ssente nnyingi oluvannyuma lw'okuwangula ekikopo kya premier league eky'omu Bungereza." }, { "english": "The media has displayed various tactics used by criminals to get money.", "luganda": "Emikutu gy'empuliziganya gyalaga obukodyo obutali bumu abafere bwe bakozesa okufuna ssente." }, { "english": "Parents teach children how to behave in society.", "luganda": "Abazadde bayigiriza abaana engeri y'okweyisaamu mu bantu." }, { "english": "Students sometimes use the internet for research.", "luganda": "Oluusi abayizi bakozesa yintaneeti okunoonyereza." }, { "english": "The literacy levels in Uganda increased by six percent compared to last year.", "luganda": "Abantu abasoma mu Uganda beeyongera ebitundu mukaaga ku buli kikumi bw'ogeraageranya n'omwaka oguwedde." }, { "english": "Some districts in Uganda do not have referral hospitals.", "luganda": "Disitulikiti ezimu mu Uganda tezirina malwaliro ga maanyi." }, { "english": "The president pledged to secure people's futures during the campaigns.", "luganda": "Bwe yali anoonya akalulu pulezidenti yeeyama okusobozesa abantu okuba n'ebiseera eby'omu maaso ebirungi." }, { "english": "Some farmers lack enough market for their produce.", "luganda": "Abalimi abamu tebalina katale kamala wa kutunda birime byabwe." }, { "english": "The government borrowed one billion American dollars to purchase coronavirus vaccines.", "luganda": "Gavumenti yeewola akawumbi ka ddoola z'Amerika kamu okugula eddagala erigema ekirwadde kya corona." }, { "english": "Some foodstuffs are contaminated during transportation.", "luganda": "Emmere emu eyonooneka etambuzibwa." }, { "english": "Tanzania attained middle-income status last year.", "luganda": "Omwaka oguwedde Tanzania yatuuka mu lubu lw'amawanga agalina enfuna ensaamusaamu." }, { "english": "The president provided land for the establishment of an athlete training facility.", "luganda": "Pulezidenti yawaayo ettaka ery'okuzimbako ekisaawe abaddusi we batendekerwa." }, { "english": "Presidential candidates should observe the standard operating procedures as they go out to campaign.", "luganda": "Abeesimbyewo ku bwa pulezidenti bwe baba banoona akalulu balina okugoberera ebiragiro ebyassibwawo okwewala okusaasaana kw'ekirwadde kya corona." }, { "english": "When sportsmen win international awards they boost the tourism industry in Uganda.", "luganda": "Bannabyamizannyo bwe bawangula awaadi ez'ensi yonna batumbula eby'obulambuzi mu Uganda." }, { "english": "Girls were advised to be aware of men who give them gifts and money.", "luganda": "Abawala baabagamba okwegendereza abasajja ababawa ebirabo ne ssente." }, { "english": "Some people opened up nightclubs during the lockdown.", "luganda": "Mu kiseera ky'omuggalo abantu abamu baggulawo kiraabu ezikola ekiro." }, { "english": "The Ministry of Health will receive one million doses of the coronavirus vaccine on Friday.", "luganda": "Ku Lwokutaano ekitongole ky'eby'obulamu kijja kufuna ddoozi z'eddagala erigema corona akakadde kamu." }, { "english": "The government intends to manufacture coronavirus vaccines.", "luganda": "Gavumenti erina ekiruubirirwa eky'okwekolera eddagala erigema ekirwadde kya corona." }, { "english": "The church provides counseling services to married couples.", "luganda": "Ekkanisa ebuulirira abafumbo." }, { "english": "Some companies laid-off workers during the lockdown.", "luganda": "Kampuni ezimu zaasalako abakozi mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "European countries provide aid to African countries.", "luganda": "Amawanga g'omu Bulaaya gawa ensi za Afirika obuyambi." }, { "english": "Parents should help children to boost their talents.", "luganda": "Abazadde basaanidde okuyamba abaana baabwe okutumbula ebitone byabwe." }, { "english": "She often visited her parents in the village.", "luganda": "Yateranga okukyalira bazadde be mu kyalo." }, { "english": "She received a birthday gift from her uncle.", "luganda": "Kojja we yamuwa ekirabo ky'amazaalibwa." }, { "english": "We visit our grandmother's grave twice a year.", "luganda": "Tulambula amalaalo ga jjajja wange omukazi emirundi ebiri buli mwaka." }, { "english": "The master of ceremony invited the graduate's friends to give a speech.", "luganda": "Omukubiriza w'omukolo yasabye mikwano gy'eyatikiddwa okubaako bye boogera." }, { "english": "The company finally recognized his hard work.", "luganda": "Kya ddaaki kampuni yasiimye emirimu gye yakola." }, { "english": "She went to the hospital yesterday.", "luganda": "Yagenze mu ddwaliro jjo." }, { "english": "I saw her moving alone during the night.", "luganda": "Nnamulabye atambula yekka ekiro." }, { "english": "Witnesses at the trial were given police protection.", "luganda": "Abajulizi mu musango baaweereddwa obukuumi bwa poliisi." }, { "english": "That is a bad idea to get the drug.", "luganda": "Si kya magezi kufuna ddagala eryo." }, { "english": "She broke her mother's cup while she was washing utensils.", "luganda": "Yayasizza ekikopo kya maama we ng'ayoza ebintu." }, { "english": "My best friend has a heart disease.", "luganda": "Mukwano gwange asingayo alina obulwadde bw'omutima." }, { "english": "The thief broke the door and entered the house.", "luganda": "Omubbi yamenye oluggi n'ayingira mu nnyumba." }, { "english": "She gave me some orange juice when I was feeling thirsty.", "luganda": "Bwe nnabadde nnumwa ennyonta yampadde emicungwa emikamule." }, { "english": "She was very kind to me.", "luganda": "Yandaze ekisa kingi." }, { "english": "He sold his piece of land.", "luganda": "Yatunda ettaka lye." }, { "english": "The farmer watered his crops during the dry season.", "luganda": "Omulimi yafukirira ebirime bye mu kiseera enkuba bwe yali nga tetonnya." }, { "english": "I learned how to wash my clothes when I joined boarding school.", "luganda": "Nnayiga okwoza engoye zange bwe nnagenda mu ssomero ly'ekisulo." }, { "english": "Whoever does not obey the school rules will be punished.", "luganda": "Buli atagondera mateeka ga ssomero ajja kubonerezebwa." }, { "english": "You are advised to carry something every time you go to visit people.", "luganda": "Kiba kirungi okubaako ky'otwala ng'ogenze okukyalira abantu." }, { "english": "Her sponsors gave her everything she needed at school.", "luganda": "Abaali bamusasulira baamuwa ebintu byonna bye yali yeetaaga ku ssomero." }, { "english": "He is watching football from the neighborhood.", "luganda": "Omupiira agulabira ku muliraano." }, { "english": "Nothing can stop me from eating what I want.", "luganda": "Tewali kisobola kunnemesa kulya kye njagala." }, { "english": "She has worked for four months without being paid.", "luganda": "Akoledde emyezi ena nga tasasulwa." }, { "english": "She was born blind.", "luganda": "Yazaalibwa muzibe." }, { "english": "She has spent ten years without seeing her family members.", "luganda": "Amaze emyaka kkumi nga talaba banganda ze." }, { "english": "That girl was allowed to continue with her studies after giving birth.", "luganda": "Omuwala oyo baamukkiriza okweyongerayo n'emisomo gye oluvannyuma lw'okuzaala." }, { "english": "My mother has gone to the garden to bring food.", "luganda": "Maama wange agenze mu nnimiro kuleeta mmere." }, { "english": "He bought a flower and gave it to his fiancé on Valentine's day.", "luganda": "Ku lunaku lwa Valentayini yagula ekimuli n'akiwa muganzi we." }, { "english": "Did that man touch you?", "luganda": "Omusajja oyo yakukutteko?" }, { "english": "I wish I did not tell him that you were coming.", "luganda": "Singa saamugambye nti ojja." }, { "english": "This year's music video awards were postponed.", "luganda": "Awaadi z'abayimbi ez'omwaka guno zaayongezebwayo." }, { "english": "She swallows medicine every day.", "luganda": "Yamiranga eddagala buli lunaku." }, { "english": "Kenya has rejected some of Uganda's exports.", "luganda": "Kenya egaanye ebimu ku by'amaguzi ebiva mu Uganda." }, { "english": "Raise your hand if you know the answer.", "luganda": "Wanika omukono bw'oba ng'omanyi eky'okuddamu." }, { "english": "He was struck by thunder.", "luganda": "Yakubwa laddu." }, { "english": "I need to hurry back home before it gets dark.", "luganda": "Nneetaaga okwanguwa okuddayo awaka nga tebunnaziba." }, { "english": "It has started raining.", "luganda": "Enkuba etandise okutonnya." }, { "english": "He slipped on the wet floor and fell.", "luganda": "Yaseeredde wansi awabissi n'agwa." }, { "english": "He hit me with a stone.", "luganda": "Yankubye ejjinja." }, { "english": "She fell in the road and the crowd gathered around him.", "luganda": "Yagudde mu kkubo abantu ne bakungaana okumwetooloola." }, { "english": "A lot happened to me during that short holiday I spent in the village.", "luganda": "Ebintu bingi byantuukako mu kaseera k'oluwummula akatono ke nnamala mu kyalo." }, { "english": "She fell and knocked her head.", "luganda": "Yagudde n'akoona omutwe." }, { "english": "My aunt recovered from her illness.", "luganda": "Ssenga wange yawonye obulwadde." }, { "english": "Her parents abandoned her at a young age.", "luganda": "Bazadde be baamusuulawo ng'akyali muto." }, { "english": "I was told to write down the names of my brothers and sisters.", "luganda": "Nagambibwa mpandiike amannya ga baganda bange ne bannnyinaze." }, { "english": "My brother will get married to his wife next weekend.", "luganda": "Muganda wange ajja kuwasa wiikendi ejja." }, { "english": "My decision to repeat senior six was to improve on my grades.", "luganda": "Nnasalawo okuddamu siniya ey'omukaaga okusobola okulinnyisa ku gguleedi zange." }, { "english": "She will begin going to school next year.", "luganda": "Ajja kutandika okusoma omwaka ogujja." }, { "english": "Our next meeting will be held on Tuesday.", "luganda": "Olukungaana lwaffe oluddako lujja kubaawo ku Lwokubiri." }, { "english": "I love reading storybooks.", "luganda": "Njagala nnyo okusoma obutabo bw'engero." }, { "english": "A family that prays together stays together.", "luganda": "Ab'omu maka abasabira awamu basigala bali bumu." }, { "english": "He has a dream of traveling to America.", "luganda": "Alina ekirooto eky'okugendako mu Amerika." }, { "english": "He plays the piano in our church.", "luganda": "Akuba ennanga mu kkanisa yaffe." }, { "english": "She is as beautiful as her mother.", "luganda": "Alabika bulungi nga maama we." }, { "english": "Some journalists were arrested for lodging with Afghan women.", "luganda": "Bannamawulire abamu baakwatibwa olw'okusula n'abakazi Abafagaani." }, { "english": "She lived alone in the village for many years.", "luganda": "Yabeera yekka ku kyalo okumala emyaka mingi." }, { "english": "He started rearing chicken in the lockdown after losing his job.", "luganda": "Yatandika okulunda enkoko mu kiseera ky'omuggalo oluvannyuma lwokufiirwa omulimu gwe." }, { "english": "Our cock crows every morning as the sun begins to rise.", "luganda": "Enkoko yaffe ekookolima buli ku makya ng'enjuba etandika okuvaayo." }, { "english": "Her grandson visited her.", "luganda": "Muzukulu we yamukyalira." }, { "english": "She was happy to see her children again.", "luganda": "Yasanyuka okuddamu okulaba ku baana be." }, { "english": "My grandmother gave me chicken when I visited her.", "luganda": "Jjajja wange omukazi yampa enkoko bwe nnagenda okumukyalira." }, { "english": "That girl talks too much.", "luganda": "Omuwala oyo ayogera nnyo." }, { "english": "He was accused of murdering his brother because of land.", "luganda": "Baamulumiriza okutta muganda we olw'ettaka." }, { "english": "I met one of my old school girls today.", "luganda": "Leero nnasisinkanye omu ku bawala be nnasoma nabo ku ssomero." }, { "english": "What has happened to the children?", "luganda": "Kiki ekituuse ku baana?" }, { "english": "Tenants should pay their rent on time.", "luganda": "Abapangisa basaanidde okusasula ssente z'ennyumba mu budde." }, { "english": "The work was finished on time.", "luganda": "Omulimu baagumalidde mu budde." }, { "english": "Where are you going at this time?", "luganda": "Ogenda wa ku ssaawa eno?" }, { "english": "Did you come while running?", "luganda": "Ozze odduka?" }, { "english": "Can I join the church choir?", "luganda": "Nsobola okwegatta ku kwaya y'ekkanisa?" }, { "english": "I have walked a long distance to reach here.", "luganda": "Ntambudde olugendo luwanvu okutuuka wano." }, { "english": "The police used sniffer dogs to search for the suspects.", "luganda": "Poliisi yakozesezza embwa eziwunyiriza olusu okunoonya abazza omusango." }, { "english": "He fired some of his workers that used to come late.", "luganda": "Yagoba abamu ku bakozi be abaateranga okujja ekikeerezi ." }, { "english": "My brother advised me to apply for an engineering course at the university.", "luganda": "Muganda wange yankubiriza okujjuzaamu empapula ezisaba okusoma emisomo gy'obwa yinginiya ku yunivasite." }, { "english": "I am going to study in Italy.", "luganda": "Ngenda kusomera Italy." }, { "english": "He passed the job interview.", "luganda": "Yayise yintaviyu y'omulimu." }, { "english": "We will set off for Masaka tomorrow morning.", "luganda": "Tujja kusimbula okugenda e Masaka enkya ku makya." }, { "english": "My father was promoted to the rank of major general.", "luganda": "Taata wange baamukuza n'adda ku ddaala erya meja genero." }, { "english": "My boss' daughter excelled in her senior six exams.", "luganda": "Muwala wa mukama wange yayitidde waggulu nnyo ebigezo bya siniya ey'omukaaga." }, { "english": "I broke my right arm in the accident.", "luganda": "Nnamenyeka omukono gwange ogwa ddyo mu kabenje." }, { "english": "My young brother refused to wash the plates.", "luganda": "Muganda wange omuto omulenzi yagaana okwoza amasowaani." }, { "english": "She accepted the job offer.", "luganda": "Yakkiriza omulimu." }, { "english": "The house is filled with darkness.", "luganda": "Ennyumba ekkute enzikiza." }, { "english": "He built his parents a four-roomed house.", "luganda": "Bazadde be yabazimbira ennyumba ya bisenge bina." }, { "english": "The minister stopped the eviction of people during the lockdown.", "luganda": "Minisita yalagira abantu balekere awo okusengulwa mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "I say my prayers before going to bed.", "luganda": "Nsaba nga sinneebaka." }, { "english": "It rained heavily during the night.", "luganda": "Enkuba yatonnye nnyo ekiro." }, { "english": "The class monitor has pinned the sweeping Rota.", "luganda": "Monita w'ekibiina atimbye olukalala lw'abeera." }, { "english": "A Ugandan was killed in Rwanda last month.", "luganda": "Munnayuganda baamuttira e Rwanda omwezi oguwedde." }, { "english": "He is applying for a government scholarship.", "luganda": "Ajjuza foomu ezisaba sikaala ya gavumenti." }, { "english": "He is planning to divorce his wife.", "luganda": "Ateekateeka kugattululwa ne mukazi we." }, { "english": "He sang in a loud voice.", "luganda": "Yayimbira mu ddoboozi lya waggulu." }, { "english": "The judge found him guilty of stealing government money.", "luganda": "Omulamuzi yakizudde nti yabba ssente za gavumenti." }, { "english": "Namboole stadium is being used as a treatment center for coronavirus patients.", "luganda": "Ekisaawe ky'e Namboole kikozesebwa okujjanjabiramu abalwadde ba corona." }, { "english": "I found them serving food.", "luganda": "Nnabasanze bagabula mmere." }, { "english": "The children went to sleep after eating.", "luganda": "Abaana beebase bamaze okulya." }, { "english": "Many schools increased their fees for the new term.", "luganda": "Amasomero mangi gaayongezza ssente za ttaamu empya." }, { "english": "He has stayed in Kampala city for a very long time.", "luganda": "Ekibuga ky'e Kampala akimazeemu ekiseera kiwanvu nnyo." }, { "english": "Their boss warned them against coming late to work.", "luganda": "Mukama waabwe yabalabudde ku ky'okujja ekikeerezi ku mulimu." }, { "english": "He did not close his door at night.", "luganda": "Teyagadde luggi lwe kiro." }, { "english": "Banks operate from Monday to Saturday.", "luganda": "Bbanka zikola okuva ku Bbalaza okutuuka ku Lwomukaaga." }, { "english": "What is the depth of this lake?", "luganda": "Ennyanja eno mpanvu kwenkana wa?" }, { "english": "This is my first time visiting Kasese district.", "luganda": "Guno gwe mulundi gwange okusoose okutuuka mu disitulikiti y'e Kasese." }, { "english": "We packed our bags the night before.", "luganda": "Ensawo zaffe twazitegeka ggulo limu." }, { "english": "My cousin spends his Christmas holidays with us every year.", "luganda": "Omu ku b'enganda zange buli mwaka ennaku za Ssekukulu azikwatira waffe." }, { "english": "We have a meeting scheduled for ten o'clock on Wednesday morning.", "luganda": "Tulina olukunngaana ku Lwokusatu essaawa nnya ez'oku makya." }, { "english": "The farm has cattle for both beef and dairy.", "luganda": "Faamu eriko ente ez'ennyama n'amata." }, { "english": "My younger son can count from one to a hundred.", "luganda": "Mutabani wange omuto asobola okubala okuva ku emu okutuuka ku kikumi." }, { "english": "In boarding schools children sleep in dormitories.", "luganda": "Mu masomero g'ebisulo abaana basula mu dometule." }, { "english": "Our new stock of clothes will arrive tomorrow.", "luganda": "Engoye zaffe empya zituuka nkya." }, { "english": "Please wipe your feet on the doormat before you come inside the house.", "luganda": "Osabibwa okusiimuula ebigere byo ku kasiimuula akali mu mulyango nga tonnayingira mu nnyumba." }, { "english": "My uncle was very happy when his son got a scholarship to study in Canada.", "luganda": "Kojja wange yasanyuka nnyo mutabani we bwe yafuna sikaala okusomera mu Canada." }, { "english": "My mother enjoys the frequent visits of her grandchildren.", "luganda": "Maama asanyuka nnyo bazukkulu be bwe bamukyalira." }, { "english": "Our offices are open from Monday to Friday.", "luganda": "Ofiisi zaffe ziba nzigule okuva ku Bbalaza okutuuka ku Lwokutaano." }, { "english": "These earrings were a gift from my aunt.", "luganda": "Ssente zino kyali kirabo okuva ewa ssenga wange." }, { "english": "The priest blessed the offering during the Sunday service.", "luganda": "Omubuulizi yasabidde ebiweebwayo omukisa mu kusinza kw'oku Ssande." }, { "english": "My brother enjoys playing tennis.", "luganda": "Muganda wange anyumirwa nnyo okuzannya omuzannyo gwa ttena." }, { "english": "He was the first journalist to be elected as a Member of Parliament.", "luganda": "Ye munnamawulire eyasooka okulondebwa okuba omubaka wa paliyamenti." }, { "english": "Do not forget to return the library books.", "luganda": "Teweerabira kukomyawo bitabo bya layibulale." }, { "english": "She will be completing her degree next year.", "luganda": "Ajja kumaliriza ddiguli ye omwaka ogujja." }, { "english": "A fundraising drive was held to raise money for cancer screening.", "luganda": "Ssente zaasoloozebwa okusobola okufuna ssente eziyamba mu kukebera ekirwadde kya kkookolo." }, { "english": "I had to fetch water from the well.", "luganda": "Nnalina okukima amazzi okuva ku luzzi." }, { "english": "The bus conductor collected money from the passengers.", "luganda": "Kondakita wa bbaasi yasoloozezza ssente okuva ku basaabaze." }, { "english": "My grandmother knits sweaters for us.", "luganda": "Jjajja waffe omukazi atulukira amasweta." }, { "english": "The farmer fenced his land with barbed wire.", "luganda": "Omulimi yeetoolozza ettaka lye ssengenge." }, { "english": "The teacher was angry at the students' misconduct in the class.", "luganda": "Omusomesa yanyiiga nnyo olw'abayizi okweyisa obubi mu kibiina." }, { "english": "The thief threatened the shopkeeper with a gun.", "luganda": "Omubbi yasonga emmundu mu oyo eyali atunda edduuka okumutiisatiisa." }, { "english": "Some bags are made of leather.", "luganda": "Ensawo ezimu bazikola mu maliba." }, { "english": "The children have to help their parents with housework.", "luganda": "Abaana balina okuyamba abazadde baabwe ku mirimu gy'awaka." }, { "english": "I bought a bar of soap.", "luganda": "Nnaguze ekitole kya ssabuuni." }, { "english": "The price of petrol is rising.", "luganda": "Ebbeeyi y'amafuta erinnye." }, { "english": "I talked to one of my wealthy customers yesterday.", "luganda": "Nnayogeddeko n'omu ku bakasitoma bange abagagga." }, { "english": "He has taken over his father's business.", "luganda": "Kati y'addukanya bizineensi ya kitaawe." }, { "english": "Our school has been in existence for fifty years.", "luganda": "Essomero lyaffe limaze emyaka ataano nga weeriri." }, { "english": "Do you have this sweater in red?", "luganda": "Olina sweta ey'ekika kino mu langi emmyufu?" }, { "english": "I have packed for you some food for the journey.", "luganda": "Nkusibiridde emmere gy'onoolya ku lugendo." }, { "english": "He is a proud father of five girls.", "luganda": "Yazaala abaana abawala bataano era bonna abeenyumirizaamu." }, { "english": "Street children survive by begging and stealing.", "luganda": "Abaana b'oku nguudo babeerawo ku kusabiriza na kubba." }, { "english": "My father drives a very old car.", "luganda": "Emmotoka taata wange gy'avuga nkadde nnyo." }, { "english": "I would like to visit Queen Elizabeth national park.", "luganda": "Njagala okugendako okulambulamu ekkuumiro ly'ebisolo erya Queen Elizabeth." }, { "english": "She accused him of stealing her bicycle.", "luganda": "Yamulumiriza okubba eggaali ye." }, { "english": "There was a huge pothole in the road.", "luganda": "Oluguudo lwalimu ekinnya ekinene." }, { "english": "He fell into the swimming pool and drowned.", "luganda": "Yagwa mu kidiba omuwugirwa n'abbira." }, { "english": "The children started crying when their parents left.", "luganda": "Abaana baatandise okukaaba nga bazadde baabwe bagenze." }, { "english": "The high court reserved its decision on that case.", "luganda": "Kooti enkulu yagaanye okwatuukiriza kye yasazeewo mu musango ogwo." }, { "english": "Pig farming is widely carried out in all regions of Uganda.", "luganda": "Abantu balunda embizzi mu bitundu bya Uganda bingi." }, { "english": "My neighbor has earned a lot of money from pork roasting.", "luganda": "Muliraanwa wange afunye ssente nnyingi mu kwokya embizzi." }, { "english": "I looked after her child when she was away on a business trip.", "luganda": "Nnalabirira omwana we bwe yali agenze ku lugendo okukola bizineensi." }, { "english": "I passed my driving test.", "luganda": "Nnayise ebigezo by'okuvuga emmotoka." }, { "english": "Have you heard the latest news?", "luganda": "Owulidde amawulire agaakagwawo?" }, { "english": "How can I start a piggery business?", "luganda": "Nnyinza ntya okutandikawo bizineensi y'okulunda embizzi?" }, { "english": "The most common breed of pigs in Uganda is the large black.", "luganda": "Ekika ky'embizzi ekisinga okulabika mu Uganda y'eyo ennene enzirugavu." }, { "english": "I am learning to ride a bicycle.", "luganda": "Njiga okuvuga eggaali." }, { "english": "What time do the fireworks start?", "luganda": "Ebiriroriro binaatandika ssaawa mmeka?" }, { "english": "There is freedom of expression in Uganda.", "luganda": "Mu Uganda abantu balina eddembe ery'okuwa endowooza yaabwe." }, { "english": "We ate fruits after dinner.", "luganda": "Twalidde ebibala oluvannyuma lw'okulya ekyeggulo." }, { "english": "The constitution gives the president power to select his cabinet.", "luganda": "Ssemateeka w'eggwanga awa pulezidenti obuyinza okulonda kabineeti ye." }, { "english": "The government is planning to reduce its public spending.", "luganda": "Gavumenti eteekateeka kukendeeza ku ssente z'esaasaanyiza ku bantu." }, { "english": "He works as a cook at our school.", "luganda": "Mufumbi ku ssomero lyaffe." }, { "english": "Our father started a family business and we work together.", "luganda": "Taata yatandikawo bizineensi era ffenna awaka tukolera wamu naye bizineensi eyo." }, { "english": "The suspect is detained at the police station.", "luganda": "Ateeberezebwa okuzza emisango akuumirwa ku poliisi." }, { "english": "He was killed in a car accident.", "luganda": "Yafiira mu kabenje k'emmotoka." }, { "english": "She is such a talented dancer.", "luganda": "Alina ekitone ky'okuzina." }, { "english": "He joined the army at sixteen years.", "luganda": "Yayingira amagye nga wa myaka kkumi na mukaaga." }, { "english": "The protesters burnt buildings and set cars on fire.", "luganda": "Abeekalakaasi baayokezza ebizimbe n'emmotoka." }, { "english": "Children often rub their eyes when they are tired.", "luganda": "Abaana batera okukunya amaaso nga bakoowu." }, { "english": "She will appear before the magistrate tomorrow.", "luganda": "Ajja kulabika mu maaso g'omulamuzi enkya." }, { "english": "The referee blew the final whistle and the game ended.", "luganda": "Ddiifiri yafuuye eddenge evannyuma omupiira ne guggwa." }, { "english": "We fetch firewood from the forest.", "luganda": "Enku tuzisennya mu kibira." }, { "english": "A crowd gathered around the accident scene.", "luganda": "Abantu baakungaanidde awaagudde akabenje." }, { "english": "He is a very cunning man.", "luganda": "Musajja mukuusa nnyo." }, { "english": "I meet many different people in my line of work.", "luganda": "Nsisinkana abantu bangi abakola omulimu nga gwe nkola." }, { "english": "The issue of land grabbing is on a rise.", "luganda": "Ekibba ttaka kyeyongedde nnyo." }, { "english": "I was caught in traffic this morning.", "luganda": "Nnabadde mu kalippagano k'ebidduka enkya ya leero." }, { "english": "I can speak six languages.", "luganda": "Nsobola okwogera ennimi mukaaga." }, { "english": "The project has insufficient funds.", "luganda": "Tewali ssente zimala kukola mulimu ogwo." }, { "english": "She dried her hair in the sun.", "luganda": "Enviiri ze yazikkalizza mu kasana." }, { "english": "Many people in rural areas face the problem of poverty.", "luganda": "Abantu bangi mu byalo baavu." }, { "english": "I gave her all the money I had.", "luganda": "Nnamuwadde ssente zonna ze nnabadde nazo." }, { "english": "She jumped from the second floor of the building and died.", "luganda": "Yabuuse okuva ku mwaliriro ogw'okubiri ogw'ekizimbe n'agwa wansi n'afa." }, { "english": "I fell asleep while listening to the radio.", "luganda": "Nneebase mpuliriza leediyo." }, { "english": "Children should be kept away from the fire while cooking.", "luganda": "Abaana basaanidde okuggibwa okumpi n'omuliro ng'ofumba." }, { "english": "I saw a stranger entering that house.", "luganda": "Nnalabye omuntu gwe sitegeera ng'ayingira mu nnyumba." }, { "english": "The cause of the fire is still unknown?", "luganda": "Tekinnamanyibwa muliro kwe gwavudde?" }, { "english": "He enjoys folk songs.", "luganda": "Anyumirwa nnyo ennyimba ez'ekika kya folk." }, { "english": "She whispered something in his ears.", "luganda": "Yamukubye akaama." }, { "english": "I received her letter the other day.", "luganda": "Ebbaluwa ye nnagifuna luli." }, { "english": "He was declared the fastest runner in the world.", "luganda": "Yalangiriddwa okuba omuddusi asingayo okuweenyuuka emisinde mu nsi yonna." }, { "english": "She sings in nightclubs.", "luganda": "Ayimbira mu kiraabu ezikola ekiro." }, { "english": "Who stole my money?", "luganda": "Ani yabbye ssente zange?" }, { "english": "A leap year has three hundred sixty-six days.", "luganda": "Omwaka ogubaawo buli luvannyuma lw'emyaka ena gubaamu ennaku bisatu nkaaga mu mukaaga." }, { "english": "The old man caught a big fish.", "luganda": "Omusajja omukadde yakutte ekyennyanja ekinene." }, { "english": "I hate that song.", "luganda": "Saagala luyimba olwo." }, { "english": "The college principal promised to look into the matter.", "luganda": "Omukulu w'essomero yasuubizza okutunula mu nsonga." }, { "english": "I went to the salon to cut my hair.", "luganda": "Nnagenze ewa kinyoozi okunsalako enviiri." }, { "english": "Food is a basic need in Uganda.", "luganda": "Emmere kyetaago ekisookerwako mu Uganda." }, { "english": "An ostrich has the longest legs.", "luganda": "Mmaaya erina amagulu agasingayo obuwanvu." }, { "english": "He sent in his apologies for not attending the meeting.", "luganda": "Yeetonze olw'obutabaawo mu lukungaana." }, { "english": "The hunters chased the buffalo into the trap.", "luganda": "Abayizzi baagobye embogo okutuusa lwe yagudde mu kitimba." }, { "english": "He is one of the fastest runners in the world.", "luganda": "Y'omu ku baddusi abasinga okuweenyuuka mu nsi yonna." }, { "english": "She lived alone for many years.", "luganda": "Yamala emyaka mingi ng'abeera yekka." }, { "english": "The hunters use traps while hunting.", "luganda": "Abayizzi bakozesa emitego nga bayigga." }, { "english": "She wanted to buy a car but she had no money.", "luganda": "Yali ayagala okugula emmotoka naye nga talina ssente." }, { "english": "The sky was filled with stars at night.", "luganda": "Eggulu lyali lijjudde emmunyeenye ekiro." }, { "english": "She is a mother of three children.", "luganda": "Maama wa baana basatu." }, { "english": "She cried out in pain when her two-year-old son died.", "luganda": "Yakaaba ng'ali mu bulumi olw'okufiirwa mutabani we ow'emyaka ebiri." }, { "english": "She worked as a nurse in the hospital.", "luganda": "Yakola nga nnaasi mu ddwaliro." }, { "english": "Our town was once visited by the president.", "luganda": "Lumu pulezidenti yakyalako mu kabuga kaffe." }, { "english": "My parents share responsibilities at home.", "luganda": "Bazadde bange bagabana obuvunaanyizibwa awaka." }, { "english": "He has three older sisters.", "luganda": "Alina bannyina basatu abamusinga obukulu." }, { "english": "She wore a sweater because it was cold outside.", "luganda": "Yayambala esweta kubanga wabweru waali wannyogoga." }, { "english": "She always greets customers with a smile.", "luganda": "Bulijjo bakasitoma ababuuza ataddeko akamwenyumwenyu." }, { "english": "His wounds were gradually healing.", "luganda": "Ebiwundu bye byali bigenda biwona." }, { "english": "Did you reach home safely?", "luganda": "Watuuse bulungi eka?" }, { "english": "Please help me clean the house.", "luganda": "Bambi nnyamba okulongoosa ennyumba." }, { "english": "What are you thinking about?", "luganda": "Olowooza ku ki?" }, { "english": "The movie was acted based on a true story.", "luganda": "Firimu baagizannya nga basinziira ku kintu ekyaliwo ddala." }, { "english": "Why was the baby crying?", "luganda": "Lwaki omwana yali akaaba?" }, { "english": "Can you give me a lift to town?", "luganda": "Osobola okuntwalako mu kibuga?" }, { "english": "The children played in the rain.", "luganda": "Abaana baazanyidde mu nkuba." }, { "english": "Social gatherings were banned due to coronavirus.", "luganda": "Abantu okukungaana awamu kyawerebwa olw'ekirwadde kya corona." }, { "english": "I bought my son a storybook.", "luganda": "Mutabani wange nnamugulidde ekitabo ky'engero." }, { "english": "The Karamojong were told to hand over their guns to the military.", "luganda": "Abakalamoja baagambibwa okuwaayo emmundu zaabwe eri amagye." }, { "english": "He wore his best clothes to the interview.", "luganda": "Bwe yali agenda okukola yintaviyu yayambala engoye ze ezisingayo obulungi." }, { "english": "My father has never been sick in his life.", "luganda": "Taata wange talwalangako mu bulamu bwe." }, { "english": "You should listen to the advice of your elders.", "luganda": "Osaanidde okuwuliriza amagezi abantu abakusinga obukulu ge bakuwa." }, { "english": "She painted a picture of her mother.", "luganda": "Yasiiga ekifaananyi kya maama we." }, { "english": "The Olympic Games unite people of all nations.", "luganda": "Emizannyo gya Olimpics gigatta wamu abantu ab'amawanga gonna." }, { "english": "Uganda has many rivers.", "luganda": "Uganda erimu emigga mingi." }, { "english": "The thief hid in the forest when the police was searching for him.", "luganda": "Omubbi yeekwese mu kibira abapoliisi bwe baabadde bamunoonya." }, { "english": "That bank is guarded day and night.", "luganda": "Bbanka eyo bagikuuma kiro na misana." }, { "english": "When the ice melts it becomes water.", "luganda": "Bbalaafu bw'asaanuuka afuuka mazzi." }, { "english": "He owns shares in that company.", "luganda": "Alina emigabo mu kampuni." }, { "english": "How did he behave towards you?", "luganda": "Yeeyisizza atya gy'oli?" }, { "english": "The company owes money to more than three banks.", "luganda": "Kampuni erina amabanja mu bbanka ezisukka mu ssatu." }, { "english": "Ice cream has different flavors.", "luganda": "Ice cream alina empooma ez'enjawulo." }, { "english": "The landlord came to collect the monthly rent.", "luganda": "Nnanyini mayumba yajja okukungaanya ssente z'obupangisa ez'omwezi." }, { "english": "A security guard was killed during the bank robbery.", "luganda": "Omukuumi baamutta ababbi bwe baali bazze okubba bbanka." }, { "english": "She has known him since childhood.", "luganda": "Abadde amumanyi okuviira ddala mu buto." }, { "english": "What type of music do you listen to?", "luganda": "Owuliriza nnyimba za ngeri ki?" }, { "english": "My brother is fond of pointing out my mistakes.", "luganda": "Muganda wange atera kunnoonyaamu nsobi." }, { "english": "She agreed to marry him.", "luganda": "Yakkiriza okumufumbirwa." }, { "english": "Can I have something to drink?", "luganda": "Nsobola okufunayo ku ky'okunywa?" }, { "english": "He was lying on the sofa watching television.", "luganda": "Yali yeebase ku ntebe ng'alaba ttivi." }, { "english": "He threw stones at the dog.", "luganda": "Yakasukira embwa amayinja." }, { "english": "Watching documentaries can be very educational.", "luganda": "Okulaba firimu eya dokyumentale kiyigiriza." }, { "english": "He joined the football team to please his father.", "luganda": "Yeegatta ku ttiimu y'omupiira olw'okwagala okusanyusa kitaawe." }, { "english": "That old chair should be thrown away.", "luganda": "Entebe eyo enkadde basaanidde okugisuula." }, { "english": "How did the accident happen?", "luganda": "Akabenje kaaguddewo katya?" }, { "english": "He is a qualified doctor.", "luganda": "Musawo mutendeke." }, { "english": "The floods in Kasese district destroyed the nearby villages.", "luganda": "Amataba e Kasese gaasaanyizaawo ebyalo ebiriraanyeewo." }, { "english": "The police rarely shoot to kill.", "luganda": "Abapoliisi tebatera kukuba bantu masasi na kigendererwa kya kubatta." }, { "english": "River Nile flows northwards to Sudan.", "luganda": "Omugga Kiyira gukulukuta gudda bukiikakkono nga gudda Sudan." }, { "english": "The teacher told us an interesting story in class.", "luganda": "Omusomesa yatunyumizza emboozi enyuma mu kibiina." }, { "english": "He decided to write a book on his initial research.", "luganda": "Yasalawo okuwandiika ekitabo ku kunoonyereza kwe yasooka okukola." }, { "english": "I am often scared to try out new things.", "luganda": "Ntera okutya okugezaako ebintu ebipya." }, { "english": "I make monthly payments on the loan.", "luganda": "Buli mwezi ebbanja ndisasulako." }, { "english": "The rainbow has eight colors.", "luganda": "Musoke aba ne langi munaana." }, { "english": "I constantly have to be reminded of how to pronounce her name.", "luganda": "Buli kiseera baba balina okunzijukiza engeri ey'okwatulamu erinnya lye." }, { "english": "What flavor of ice cream do you like?", "luganda": "Ice cream ki gw'osinga okwagala?" }, { "english": "Her mother died when she was ten years.", "luganda": "Maama we yafa nga wa myaka kkumi." }, { "english": "The storybook has a sad ending.", "luganda": "Akatabo k'olugero kaakomekkereza na nnaku." }, { "english": "My grandmother babysits my younger brother when my parents are at work.", "luganda": "Jjajja wange omukazi y'alera muganda wange omuto nga bazadde baffe bagenze ku mulimu." }, { "english": "My extended family usually gets together during the Christmas holidays.", "luganda": "Ab'engada zaffe n'abako batera okukungaanako awamu mu kiseera kya Ssekukkulu." }, { "english": "At the Olympics different people participate in the different games.", "luganda": "Mu Olympics abantu ab'enjawulo beenyigira mu mizannyo egy'enjawulo." }, { "english": "Did you have a good time at the party?", "luganda": "Wanyumiddwa akabaga?" }, { "english": "My grandmother is sick.", "luganda": "Jjajja wange omukazi mulwadde." }, { "english": "My aunt is an actress.", "luganda": "Ssenga wange muzannyi wa mizannyo." }, { "english": "She went to the hospital yesterday.", "luganda": "Yagenze mu ddwaliro jjo." }, { "english": "We felt sad about his death.", "luganda": "Okufa kwe kwatunakuwaza nnyo." }, { "english": "She allowed him to stay for a few more days.", "luganda": "Yamukkiriza okusigalawo ennaku endala nga ziizo." }, { "english": "The robbers wore masks to hide their faces.", "luganda": "Ababbi baayambala obukookolo okusobola okwebuzaabuza." }, { "english": "His friends hid him from the police.", "luganda": "Mikwano gye baamukweka poliisi." }, { "english": "Where do you come from?", "luganda": "Ewammwe ye wa?" }, { "english": "Are there any vacant rooms in this hotel?", "luganda": "Waliwo ebisenge ebitaliimu bagenyi mu wooteeri eno?" }, { "english": "I have a cat as a pet.", "luganda": "Nnina kapa awaka." }, { "english": "I planted flowers in my compound.", "luganda": "Nnasimba ebimuli mu luggya lwange." }, { "english": "Would you mind if I closed the window?", "luganda": "Ofaayo singa nzigalawo eddirisa?" }, { "english": "He puts his dirty clothes in the basket.", "luganda": "Engoye ze enkyafu azissa mu kisero." }, { "english": "The performers were waiting behind the curtain.", "luganda": "Abazannyi baali mabega wa lutimbe nga balindiridde." }, { "english": "He drew a picture of his wife.", "luganda": "Yakuba ekifaananyi kya mukazi we." }, { "english": "She is five and a half months pregnant.", "luganda": "Alina olubuto lwa myezi etaano n'ekitundu." }, { "english": "I arranged the books on the shelves.", "luganda": "Nnategese ebitabo mu masa." }, { "english": "She comes from a musical family.", "luganda": "Amaka mw'ava mayimbi." }, { "english": "She works for a company that publishes reference books.", "luganda": "Akolera kampuni ekuba ebitabo ebijulizibwamu." }, { "english": "I owe you an apology.", "luganda": "Nkwetondera." }, { "english": "Pink is my favorite color.", "luganda": "Pinka ye langi gye nsinga okwagala." }, { "english": "Do you need any help?", "luganda": "Weetaaga obuyambi bwonna?" }, { "english": "Innocent people were killed in Masaka district.", "luganda": "Abantu abatalina musango battibwa mu disitulikiti y'e Masaka." }, { "english": "He fought for his country.", "luganda": "Yalwanirira ensi ye." }, { "english": "Our television license expires next month.", "luganda": "Layisinsi ya ttivi yaffe eggwako omwezi ogujja." }, { "english": "Most elderly people are on medication.", "luganda": "Abantu bangi abakuze mu myaka balina obujjanjabi bwe baliko." }, { "english": "I congratulate you on passing the exams.", "luganda": "Nkuyozaayoza olw'okuyita ebigezo." }, { "english": "My phone was stolen.", "luganda": "Essimu yange baagibba." }, { "english": "He is looking forward to starting his new job.", "luganda": "Yeesunga okutandika okukola omulimu gwe omupya." }, { "english": "My wall clock is five minutes behind.", "luganda": "Essaawa yange ey'oku kisenge eri ddakiika ttaano emabega." }, { "english": "Let me introduce you to my parents.", "luganda": "Ka nkwajule eri bazadde bange." }, { "english": "How long have you been married?", "luganda": "Mumaze bbanga lyenkana wa mu bufumbo?" }, { "english": "Social distancing has to be maintained to prevent the spread of coronavirus.", "luganda": "Abantu balina okwewa amabanga okusobola okwewala okusaasaanya ekirwadde kya corona." }, { "english": "Do not despise others because they are poor.", "luganda": "Tonyoomanga balala lwa kuba baavu." }, { "english": "The doctor diagnosed him with food poisoning.", "luganda": "Omusawo yakizuula nti yalya emmere ey'obutwa." }, { "english": "The authorities urged everyone to keep calm.", "luganda": "Ab'obuyinza baakubiriza buli omu okusigala nga mukkakkamu." }, { "english": "She is envied by many of her peers.", "luganda": "Bangi ab'emyaka gye bamwegomba." }, { "english": "She is a mother to twins.", "luganda": "Yazaala abalongo." }, { "english": "Many African parents have more than three children.", "luganda": "Abazadde bangi mu Afirika balina abaana abasukka mu basatu." }, { "english": "He insisted that communication within a family is important.", "luganda": "Yakikkaatiriza nti empuliziganya nkulu nnyo mu maka." }, { "english": "Agriculture is a common economic activity in Uganda", "luganda": "Abantu bangi mu Uganda bafuna ssente mu kulima." }, { "english": "Our village does not have piped water.", "luganda": "Ekyalo kyaffe tekirina mazzi ga ttaapu." }, { "english": "The president commended civil servants for their hard work.", "luganda": "Pulezidenti yeebaza abakozi ba gavumenti olw'omulimu ogw'amaanyi gwe bakola." }, { "english": "Many Ugandans are underpaid.", "luganda": "Bannayuganda abasinga obungi basasulwa kitono." }, { "english": "She received a great pay raise this year.", "luganda": "Baayongeza nnyo omusaala gwe omwaka guno." }, { "english": "The change in seasons confused farmers on when to plant their crops.", "luganda": "Enkyukakyuka mu mbeera y'obudde yatabula abalimi ne batamanya ddi lwe basaanidde okusimba birime." }, { "english": "The students were told not to play around rivers without adult supervision.", "luganda": "Abayizi baabagamba okwewala okuzannyira okumpi n'omugga nga tebali na bantu bakulu." }, { "english": "Most of the people who were invited to the wedding have confirmed their attendance.", "luganda": "Abantu abasinga obungi abaayitibwa ku mbaga baakakasizza nti bajja kujja." }, { "english": "He died in the hospital last night.", "luganda": "Yafiiridde mu ddwaliro ekiro ekiyise." }, { "english": "Swarms of locusts are destroying crops in Northern Uganda.", "luganda": "Enzige zoonoona ebirime mu bukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "The presidential elections were postponed by three months.", "luganda": "Okulonda kwa pulezidenti kwayongezebwayo emyezi esatu." }, { "english": "The president paid his respects to the lives that were lost in the bombings yesterday.", "luganda": "Pulezidenti yakungubagidde abantu abaafiiridde mu kubwatuka kwa bbomu jjo." }, { "english": "More than half of the students are down with a cold.", "luganda": "Abayizi abasukka mu kimu kya kubiri ssenyiga abakubye wansi." }, { "english": "Their coach assured them that they would be more than ready for the match on Monday.", "luganda": "Omutendesi waabwe yabakakasa nti olunaku lwa Bbalaza we lunaatuukira bajja kuba beetegekedde bulungi nnyo omuzannyo." }, { "english": "Many Ugandans are leaving the country in search of a better life.", "luganda": "Bannayuganda bangi bava mu Uganda okugenda mu mawanga amalala okunoonya obulamu obusingako." }, { "english": "She said patient information is confidential.", "luganda": "Yagamba nti ebikwata ku balwadde birina okukuumibwa nga bya kyama." }, { "english": "We live next to each other.", "luganda": "Tuli baliraanwa." }, { "english": "He will be competing in the swimming competition again for the first time in five years.", "luganda": "Agenda kuddamu yeenyigire mu mpaka z'okuwuga oluvannyuma lw'emyaka etaano bukya asemba okuzeenyigiramu." }, { "english": "The winner of the debate competition will travel to Burundi for the next stage.", "luganda": "Anaawangula empaka z'okukubaganya ebirowoozo ajja kugenda Burundi ku mutendera oguddako." }, { "english": "Companies should encourage their workers to carry out regular health checkups.", "luganda": "Kampuni zisaanidde okukubiriza abakozi baazo okwekebezanga obulwadde buli luvannyuma lw'ekiseera." }, { "english": "Many youths don't have fishing skills.", "luganda": "Abavubuka bangi tebalina bumanyirivu mu kuvuba." }, { "english": "Those are the two teams that qualified for the football final match.", "luganda": "Ezo ze ttiimu z'omupiira ebbiri ezaayitamu okuzannya empaka ez'akamalirizo." }, { "english": "Most football teams did not make it to the next round.", "luganda": "Ttiimu z'omupiira ezisinga obungi tezaayitamu kugenda ku mutendera guddako." }, { "english": "Tourism is a source of employment.", "luganda": "Eby'obulambuzi biwa abantu emirimu." }, { "english": "Most of the houses were destroyed in the floods last week.", "luganda": "Amayumba agasinga obungi amataba gaagoonoona wiiki ewedde." }, { "english": "The hotel manager denied having received any money from the customers.", "luganda": "Maneja wa wooteeri yeegaana okuba nti alina ssente zonna ze yali afunye okuva ku bakasitoma." }, { "english": "Motorcyclists complained that the newly enforced curfew reduces their hours of operation.", "luganda": "Abavuzi ba pikipiki beemulugunya nti essaawa za kafiyu zibanyigiriza nnyo bwe kituuka ku ssaawa ze banyukirako." }, { "english": "That man was arrested for physically assaulting a policeman.", "luganda": "Omusajja oyo baamukwata olw'okukuba omusirikale." }, { "english": "This is their first time to win in this competition.", "luganda": "Guno gwe mulundi gwabwe ogusoose okuwangula empaka zino." }, { "english": "The president said the elderly will be a priority during the distribution of the coronavirus vaccines.", "luganda": "Pulezidenti yagamba nti abakaddiye basaanidde okusoosowazibwa mu kugema ekirwadde kya corona." }, { "english": "There is a shortage of blood in the hospital blood bank.", "luganda": "Waliwo ebbula ly'omusaayi mu malwaliro." }, { "english": "Women lose some blood after giving birth.", "luganda": "Abakazi bafiirwa omusaayi ogumu oluvannyuma lw'okuzaala." }, { "english": "Many foreign countries donate funds to African countries.", "luganda": "Ensi z'ebweru nnyingi ziwa ssente amawanga ga Afirika." }, { "english": "The police was instructed to arrest people moving without face masks.", "luganda": "Poliisi baagiragira okukwata abantu bonna abatambula nga tebambadde bukookolo." }, { "english": "The president died in his sleep.", "luganda": "Pulezidenti yafiiridde mu tulo." }, { "english": "The government should ensure that all foodstuffs sold in markets are safe.", "luganda": "Gavumenti esaanidde okukakasa nti eby'okulya byonna ebitundibwa mu butale si bya bulabe eri abantu." }, { "english": "The Olympic games have to be postponed for health reasons.", "luganda": "Emizannyo gya Olympic girina okwongezebwayo olw'ensonga z'eby'obulamu." }, { "english": "She said her opponent is a very tough competitor.", "luganda": "Yagamba nti oyo amuvuganya si mwangu." }, { "english": "Voters have the right to vote in a free and fair election.", "luganda": "Abalonzi balina eddembe okulonda mu kulonda okw'amazima n'obwenkanya." }, { "english": "Children should be taught to help the needy.", "luganda": "Abaana basaanidde okuyigirizibwa okuyamba abali mu bwetaavu." }, { "english": "Many cultural practices are ignored these days.", "luganda": "Eby'obuwangwa bingi biragajjaliddwa nnyo ennaku zino." }, { "english": "More than half of the country's population is below the poverty line.", "luganda": "Abantu abasukka mu kimu kya kubiri mu ggwanga baavu." }, { "english": "This year's election has many new candidates.", "luganda": "Abantu bangi beesimbyewo mu kulonda kw'omwaka guno." }, { "english": "The school banned the bribing of school staff and students.", "luganda": "Essomero lyawera eky'okugulirira abasomesa n'abayizi." }, { "english": "He died of a heart attack this morning.", "luganda": "Yafudde kikutuko enkya ya leero." }, { "english": "Concerts will now be held online.", "luganda": "Ebivulu kati bya kukolebwa ku yintaneeti." }, { "english": "The band was praised for its good music.", "luganda": "Bbandi baagitenderezza olw'ennyimba zaayo ennungi." }, { "english": "Teenagers should be taught to respect their parents.", "luganda": "Abavubuka basaanidde okutendekebwa okussa ekitiibwa mu bazadde baabwe." }, { "english": "Child labor is a crime punishable by the law.", "luganda": "Okukozesa abaana abato emirimu guba musango." }, { "english": "There are many hair salons in this area.", "luganda": "Ekitundu kirimu saluuni z'enviiri nnyingi." }, { "english": "Customers should be your priority in any business.", "luganda": "Osaanidde okukulembeza bakasitoma mu bizineensi yonna." }, { "english": "Many pilgrims come to Namugongo on martyrs day.", "luganda": "Abalamazi bangi bajja e Namugongo ku lunaku lw'abajulizi." }, { "english": "There is a lot of congestion in some parts of the city.", "luganda": "Ebitundu by'ekibuga ebimu birimu omugotteko mungi." }, { "english": "She considers herself a very brilliant girl.", "luganda": "Omuwala oyo yeetwala nti mugezi nnyo." }, { "english": "The winning team was three points ahead of my team.", "luganda": "Ttiimu eyawangula yasingako ttiimu yange obubonero busatu." }, { "english": "The government suspended concerts because of the pandemic.", "luganda": "Gavumenti yawera ebivvulu olw'ekirwadde." }, { "english": "Drug abuse has led to many deaths in the entertainment industry.", "luganda": "Ekisinga okutta abayimbi ne bannakatemba kwe kukozesa obubi ebiragalalagala." }, { "english": "The journalist that covered the president's swearing-in ceremony did a good job.", "luganda": "Munnamawulire eyakwata okulayizibwa kwa pulezidenti yakola omulimu mulungi." }, { "english": "Chiefs and kings are buried in tombs.", "luganda": "Abaami ne bakabaka baziikibwa mu masiro." }, { "english": "She thanked us all for honoring her invitation to her wedding.", "luganda": "Yatusiima ffenna olw'okukkiriza okubaawo ku mbaga ye." }, { "english": "More than half of the voters voted for her.", "luganda": "Abalonzi abasukka mu kimu kya kubiri baamulonda." }, { "english": "We work to better our standards of living.", "luganda": "Tukola okusobola okulongoosa embeera yaffe ey'obulamu." }, { "english": "She is greatly loved by her grandchildren.", "luganda": "Bazukkulu be bamwagala nnyo." }, { "english": "She was a teacher for forty years.", "luganda": "Yasomesezza emyaka ana." }, { "english": "All teachers in that school teach at least two subjects.", "luganda": "Abasomesa bonna ku ssomero basomesa waakiri amasomo abiri." }, { "english": "All the pupils took part in the class dance.", "luganda": "Abayizi bonna beetaba mu mazina g'ekibiina." }, { "english": "People still talk about him decades after his death.", "luganda": "Abantu bakyamwogerako wadde nga wayise emyaka mingi bukya afa." }, { "english": "She said Paris is a beautiful city.", "luganda": "Yagamba ekibuga Paris kirabika bulungi nnyo." }, { "english": "He described himself as a fun-loving man.", "luganda": "Yeeyogerako ng'omusajja ayagala eby'amasanyu." }, { "english": "He was one of the soldiers in that rebel group.", "luganda": "Yali omu ku bayeekera abo." }, { "english": "His death will affect not only his family but the entire community.", "luganda": "Okufa kwe kujja kukosa ab'omu maka ge n'abantu bonna okutwalira awamu." }, { "english": "The minister urged employers to be patient with workers during this trying time.", "luganda": "Minisita yakubiriza abakozesa abantu okugumiikiriza abakozi baabwe mu kiseera kino ekizibu." }, { "english": "This company opened up a branch in my village.", "luganda": "Kampuni eno yaggulawo ettabi ku kyalo kyaffe." }, { "english": "There were many witnesses at the crime scene.", "luganda": "Abantu bangi baali kifo omusango we gwazzibwa." }, { "english": "The church should welcome people regardless of their financial standards.", "luganda": "Ekkanisa esaanidde okusembeza abantu ka babe baavu oba bagagga." }, { "english": "He is a very talented singer.", "luganda": "Alina ekitone kya maanyi mu kuyimba." }, { "english": "Everyone in the audience loved his performance.", "luganda": "Engeri gye yayimbyemu yasanyusizza buli omu ku bawagizi." }, { "english": "Women work twice as hard to earn the same respect as men.", "luganda": "Abakazi bakola nnyo okusobola okufuna ekitiibwa kye kimu ng'eky'abasajja." }, { "english": "Many men watch football religiously.", "luganda": "Abasajja bangi baagala nnyo okulaba omupiira." }, { "english": "The chief has a lot of influence in the village.", "luganda": "Omwami alina obuyinza bungi ku kyalo." }, { "english": "Some children drop out of school because their parents can’t afford to pay school fees.", "luganda": "Abaana abamu bawanduka mu ssomero olw'okuba bazadde baabwe tebalina ssente zibaweerera." }, { "english": "She has no interest in getting a second degree.", "luganda": "Tayagala kuyitira mu guleedi ya kubiri." }, { "english": "Teaching has always been a passion.", "luganda": "Abaddenga ayagala nnyo okusomesa." }, { "english": "She is a well-known marriage counselor.", "luganda": "Amanyiddwa nnyo olw'okuwa amagezi agakwata ku bufumbo." }, { "english": "She encouraged women to leave abusive relationships.", "luganda": "Yakubiriza abakazi okuva mu maka mwe batulugunyizibwa." }, { "english": "The district leaders discouraged the people from cutting down trees.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti baakubiriza abantu okwewala okutema emiti." }, { "english": "She has very long hair.", "luganda": "Enviiri ze mpanvu nnyo." }, { "english": "Women and men have different color choices.", "luganda": "Abasajja n'abakazi baagala langi za njawulo." }, { "english": "Students were advised to spend their holidays fruitfully.", "luganda": "Abayizi baakubirizibwa okukozesa obulungi ebiseera by'oluwummula." }, { "english": "The teachers asked the school administration for laptops.", "luganda": "Abasomesa baasaba abakulembeze b'essomero okubawa kompyuta ez'ekika kya laputopu." }, { "english": "All the men present were tested for prostate cancer.", "luganda": "Abasajja bonna abaabaddewo baabakebedde kkookolo w'akawago." }, { "english": "Parents should be mindful of how they treat their children.", "luganda": "Abazadde balina okwegendereza engeri gye bayisaamu abaana baabwe." }, { "english": "He cautioned policemen against receiving bribes.", "luganda": "Yalabula abapoliisi okwewala okulya enguzi." }, { "english": "She told the investigators that they were incompetent.", "luganda": "Yagamba abanoonyereza nti baali tebakola bulungi mulimu gwabwe." }, { "english": "The mayor announced the winners immediately after the race.", "luganda": "Meeya yalangiridde abawanguzi amangu ddala ng'empaka zaakaggwa." }, { "english": "He said he would do anything to retain his seat.", "luganda": "Yagamba nti ajja kukola kyonna ekisoboka okusigaza ekifo kye." }, { "english": "The opposition leaders are not happy with the current government.", "luganda": "Abakulembeze b'oludda oluvuganya si basanyufu na gavumenti eriko." }, { "english": "She portrays him as an outsider.", "luganda": "Amulaga ng'omugwira." }, { "english": "Parliament has passed a law on children's rights.", "luganda": "Palamenti eyisizza etteeka erikwata ku ddembe ly'abaana." }, { "english": "He sent armed men to kill his rival.", "luganda": "Yasindika abasajja b'emmundu okutta amuvuganya." }, { "english": "She keeps holding onto the past.", "luganda": "Alemera ku by'emabega." }, { "english": "The constituency has one thousand voters.", "luganda": "Ekitundu kirimu abalonzi lukumi." }, { "english": "The police officer was arrested for violating human rights.", "luganda": "Owa poliisi baamukutte lwa kulinnyirira ddembe ly'obuntu." }, { "english": "She tortured her stepson to death.", "luganda": "Yatulugunya omwana wa muggya we okutuusa lwe yamutta." }, { "english": "The woman in the seat behind me was breastfeeding.", "luganda": "Omukazi eyali atudde mu ntebe emabega wange yali ayonsa." }, { "english": "He played a key role in the movie production.", "luganda": "Yazannya ekifo kikulu nnyo mu kukola firimu eyo." }, { "english": "The road has a poor drainage system.", "luganda": "Ekkubo tebaalikolera mikutu gya mazzi mirungi." }, { "english": "The hotel was closed because it had no proper sanitation facilities.", "luganda": "Wooteeri yaggalwa olw'okuba eby'obuyonjo byali bubi." }, { "english": "The clinic provides free health care to the elderly.", "luganda": "Akalwaliro kajjanjabira bwereere abakadde." }, { "english": "The opposition expected to win the election.", "luganda": "Ab'oludda oluvuganya baali basuubira okuwangula akalulu." }, { "english": "The dentist confirmed our appointment.", "luganda": "Omusawo w'amannyo yakakasizza ddi lwe tugenda okumulaba." }, { "english": "He chose not to comment about her dress code.", "luganda": "Yasalawo obutoogera ku nnyambala yaabwe." }, { "english": "She is an independent woman.", "luganda": "Omukazi oyo kyetwala." }, { "english": "The candidates were delighted that the public came to cheer them on.", "luganda": "Abavuganya baasanyuka nnyo abantu bwe bajja okwoleka obuwagizi bwabwe gye bali." }, { "english": "My son is very confident.", "luganda": "Mutabani wange yeekakasa nnyo." }, { "english": "The milkman is friendly with his customers.", "luganda": "Omusajja atunda amata akola omukwano ku bakasitoma be." }, { "english": "The children listened to the speaker for a little while but then lost interest.", "luganda": "Abaana baawulirizza omwogezi okumala akaseera katono naye ne birekera awo okubanyumira." }, { "english": "The youths are energetic.", "luganda": "Abavubuka baba ba maanyi." }, { "english": "Some people still work from home because of coronavirus.", "luganda": "Abantu abamu bakyakolera waka olw'ekirwadde kya corona." }, { "english": "She sells bananas in the trading center.", "luganda": "Atundira amatooke mu sitenseni." }, { "english": "He promised to give jobs to unemployed youths.", "luganda": "Yasuubiza okuwa emirimu abavubuka abatalina mirimu." }, { "english": "Some children are eagerly waiting for schools to open.", "luganda": "Abaana abamu beesunga lwe banaggulawo amasomero." }, { "english": "Sometimes families controlled religious functions.", "luganda": "Ebiseera ebimu ab'omu maka agamu beefuganga emikolo gy'eddiini." }, { "english": "My father enjoys listening to radio talk shows.", "luganda": "Taata wange anyumirwa nnyo okuwuliriza abantu nga bakubagangya ebirowoozo ku leediyo." }, { "english": "She went to his house to ask for child support.", "luganda": "Yagenda mu maka ge okumusaba obuyambi bw'omwana." }, { "english": "Pigs play in muddy paddles.", "luganda": "Embizzi zizannyira mu bisooto." }, { "english": "Some voters were not happy with the outcomes of the election.", "luganda": "Abalonzi abamu tebaasanyukira byava mu kulonda." }, { "english": "Their family is united.", "luganda": "Amaka gaabwe gali bumu." }, { "english": "Twenty percent of the country's population are youths.", "luganda": "Ebitundu abiri ku buli kikumi eby'abantu mu ggwanga bavubuka." }, { "english": "He is planning for his trip to Uganda.", "luganda": "Ateekateeka lugendo lwe olw'okujja mu Uganda." }, { "english": "She is chaotic but funny.", "luganda": "Wa kavuyo naye asesa." }, { "english": "I love smelling good.", "luganda": "Njagala okuwunya obulungi." }, { "english": "He was bitten by mosquitoes when they went camping.", "luganda": "Yalumwa ensiri nga bagenze okubeera mu nsiisira." }, { "english": "He speaks ill of his elder brother.", "luganda": "Ayogera bubi ku muganda we omukulu." }, { "english": "My students make me upset.", "luganda": "Abaana be nsomesa banyiizza." }, { "english": "I could not participate in the elections because I was sick.", "luganda": "Seetaba mu kulonda kubanga nnali mulwadde." }, { "english": "He didn't like the idea of forming a pressure group.", "luganda": "Teyawagira kya kutandikawo kibiina kivuganya." }, { "english": "She is preparing for an online interview.", "luganda": "Yeetegekera yintaviyu gy'agenda okukolera ku yintaneeti." }, { "english": "The lawyer and his client quarreled over the issue of money.", "luganda": "Looya ne gw'akolera baakaayanye ku ssente." }, { "english": "They wake up earlier than us.", "luganda": "Batusooka okuzuukuka." }, { "english": "He likes her voice.", "luganda": "Eddoboozi ly'omuwala oyo limusanyusa." }, { "english": "Her son hugs strangers.", "luganda": "Mutabani we agwa mu kifuba abantu b'atamanyi." }, { "english": "My daughter loves cuddles.", "luganda": "Muwala wange ayagala nnyo okumuwambaatira." }, { "english": "Infants are cared for by their parents.", "luganda": "Abaana abawere balabirirwa bazadde baabwe." }, { "english": "Babies have cute smiles.", "luganda": "Abaana abawere baba n'akamwenyumwenyu akalungi." }, { "english": "Her father soothed her with a song.", "luganda": "Taata we amukkakkanya ng'amuyimbira akayimba." }, { "english": "My baby woke up in a good mood today.", "luganda": "Omwana wange omuwere yazuukuse ali mu mbeera nnungi leero." }, { "english": "Parents give their children hugs as soon as they come home.", "luganda": "Abazadde bagwa abaana baabwe mu kifuba nga baakakomawo awaka." }, { "english": "He wrapped his little arms around his mother.", "luganda": "Yakutte maama we n'amwetoolooza obukono bwe obutono." }, { "english": "My friend gave me a comforting hug when she came to see me in the hospital.", "luganda": "Mukwano gwange yambudaabuda bwe yangwa mu kifuba ng'azze okundaba mu ddwaliro." }, { "english": "Parents enjoy being around their children.", "luganda": "Abazadde basanyuka nnyo okubeerako awamu n'abaana baabwe." }, { "english": "She loves her sisters so much.", "luganda": "Ayagala nnyo baganda be abawala." }, { "english": "My children smile when I hug them.", "luganda": "Abaana bange bamwenya nga mbagudde mu kifuba." }, { "english": "Vision can be restored if the fault is detected at an early stage.", "luganda": "Omuntu azibye amaaso asobola okuddamu okulaba singa ekizibu ekimuviiriddeko okuziba kizuulwa nga bukyali." }, { "english": "Her heart rate went up when the doctor walked into the room", "luganda": "Omutima gwe gwatandika okukuba ennyo omusawo bwe yayingira mu kisenge." }, { "english": "She has difficulties in breathing.", "luganda": "Akaluubirirwa okussa." }, { "english": "Their relationship started with a hug.", "luganda": "Omukwano gwabwe gwatandika na kwegwa mu kifuba." }, { "english": "Abortion is dangerous.", "luganda": "Kya bulabe okuggyamu olubuto." }, { "english": "Parents should talk to their children about the danger of having sex before marriage.", "luganda": "Abazadde basaanidde okwogera n'abaana baabwe ku kabi akali mu kwenyigira mu bikolwa eby'okwegatta nga tebannayingira bufumbo." }, { "english": "She is pregnant again.", "luganda": "Era ali lubuto." }, { "english": "She is afraid of staying in the house alone.", "luganda": "Atya okubeera mu nnyumba yekka." }, { "english": "Should sex education be done at school or at home?", "luganda": "Okuyigiriza abaana ebikwata ku by'okwegatta kirina kukolebwa ku ssomero oba waka?" }, { "english": "The government has imposed curfew in the country.", "luganda": "Gavumenti etaddewo kafiyu mu ggwanga." }, { "english": "She wants to talk to a counselor.", "luganda": "Ayagala okwogerako n'omuwi w'amagezi." }, { "english": "The country has a high population growth.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu mu ggwanga gulinnyira ku sipiidi." }, { "english": "Young people need support from their parents.", "luganda": "Abaana beetaaga nnyo obuyambi bwa bazadde baabwe." }, { "english": "Students are always encouraged to work very hard.", "luganda": "Abayizi bulijjo babakubiriza okukola ennyo." }, { "english": "The girls in Northern Uganda were given reusable sanitary pads.", "luganda": "Abawala mu Bukiikakkono bwa Uganda baaweebwa eby'okukozesa mu nsonga z'abakyala ebisobola okuddamu okukozesebwa." }, { "english": "The social stigma around it is heavy.", "luganda": "Abantu bangi bababoola." }, { "english": "Contraceptives should be affordable.", "luganda": "Ebikozesebwa okugema okuzaala tebisaanidde kuba bya buseere." }, { "english": "Youth should be encouraged to always work very hard.", "luganda": "Abavubuka basaanidde okukubirizibwa okukola ennyo bulijjo." }, { "english": "Sports education can be part of the school curriculum.", "luganda": "Eby'emizannyo bisaanidde okuba mu masomo abaana ge basoma ku ssomero." }, { "english": "Some people in villages have no access to family planning services.", "luganda": "Abantu abamu mu byalo tebasobola kufuna bintu bikozesebwa mu kugema okuzaala." }, { "english": "He was arrested for sexual abuse.", "luganda": "Yakwatibwa olw'okukabasanya." }, { "english": "Condoms are cheap and easy to access.", "luganda": "Kondomu si za buseere era nnyangu okufuna." }, { "english": "Our family doctor is very friendly.", "luganda": "Omusawo atujjanjaba awaka wa mukwano nnyo." }, { "english": "She is interested in family planning.", "luganda": "Ayagala okumanya ebikwata ku nkola ez'ekizaala ggumba." }, { "english": "Many girls have dropped out of school because of unwanted pregnancies.", "luganda": "Abawala bangi bavudde mu masomero olw'okufuna embuto ze bateeyagalidde." }, { "english": "In some countries abortion is illegal.", "luganda": "Mu nsi ezimu kimenya mateeka okuggyamu olubuto." }, { "english": "The book can be read by high school students studying history.", "luganda": "Ekitabo ekyo kisobola okusomebwa abayizi ba sekendule abasoma emisomo gy'ebyafaayo." }, { "english": "She could not tell her mother that she was pregnant.", "luganda": "Yali tasobola kugamba maama we nti ali lubuto." }, { "english": "Her best friend was also her matron at the wedding.", "luganda": "Mukwano gwe asingayo era ye yali metulooni we ku mbaga." }, { "english": "The procedure took four hours.", "luganda": "Kyatwala essaawa nnya." }, { "english": "Some girls have basic knowledge about contraceptives.", "luganda": "Abawala abamu bamanyi kitono ku nkola eziziyiza okuzaala." }, { "english": "Abortion pills should not be sold to teenagers.", "luganda": "Amakelenda agaggyamu embuto tegasaanidde kutundibwa eri bavubuka." }, { "english": "Parents interact with teachers during visitation day.", "luganda": "Abazadde boogerako n'abasomesa nga bagenze okukyalira abaana baabwe ku ssomero." }, { "english": "She started using birth control pills after her first baby.", "luganda": "Bwe yamala okuzaala omwana we eyasooka yatandika okukozesa amakerenda agaziyiza okuzaala." }, { "english": "Parents and teachers should teach children morals.", "luganda": "Abazadde n'abasomesa basaanidde okuyigiriza abaana empisa." }, { "english": "Women were encouraged to talk about contraception.", "luganda": "Abakazi baabakubiriza okwogera ku nkola eziziyiza okuzaala." }, { "english": "Adults are allowed to join the mountain biking activities.", "luganda": "Abakulu bakkirizibwa okwenyigira mu mizannyo gy'obugaali obulinnya ensozi." }, { "english": "Do you know his name?", "luganda": "Omanyi erinnya lye?" }, { "english": "The headteacher encourages students to clean the classroom every day after class.", "luganda": "Omukulu w'essomero akubiriza abayizi okulongoosa ekibiina buli lunaku nga bamaze okusoma." }, { "english": "Some children love reading storybooks.", "luganda": "Abaana abamu banyumirwa okusoma obutabo bw'engero." }, { "english": "The boxes are too heavy for them to carry.", "luganda": "Bbookisi zizitowa nnyo tebasobola kuzisitula." }, { "english": "Her uncle is a policeman.", "luganda": "Kojja we mupoliisi." }, { "english": "Attach copies of your academic documents to the application.", "luganda": "Ku bbaluwa esaba omulimu ssaako empapula zo ez'obuyigirize." }, { "english": "The kidnappers tortured him before dumping him in the forest.", "luganda": "Abaamuwamba baasooka kumutulugunya nga tebannamusuula mu kibira." }, { "english": "He murdered his wife.", "luganda": "Yatta mukazi we." }, { "english": "The secretary looked through the file before giving it to her boss.", "luganda": "Omuwandiisi yasooka kutunula mu fayiro nga tannagikwasa mukama we." }, { "english": "He pleaded guilty to three robberies.", "luganda": "Yakkiriza nti ye yazza emisango gy'obubbi esatu." }, { "english": "He was denied bail.", "luganda": "Teyakkirizibwa kweyimirirwa." }, { "english": "Justice was served.", "luganda": "Obwenkanya bwalagiddwa." }, { "english": "The old woman uses a stick to support herself.", "luganda": "Omukazi omukadde akozesa muti okwewanirira." }, { "english": "Happy Father's Day to all the fathers in the world.", "luganda": "Bataata bonna mu nsi tubaagaliza olunaku lwa bataata olw'essanyu." }, { "english": "My daughter likes to play with dolls.", "luganda": "Muwala wange ayagala nnyo okuzannyisa ddole." }, { "english": "Her father listened carefully to her graduation speech.", "luganda": "Taata we yawuliriza bulungi bwe yali ayogera ku lunaku lw'amatikkira ge." }, { "english": "After the separation she decided to raise her children alone.", "luganda": "Bwe baayawukana yasalawo okukuza yekka abaana be." }, { "english": "We visit our relatives during the holidays.", "luganda": "Tukyalira ab'enganda zaffe mu nnaku ez'oluwummula." }, { "english": "He requested for more time to finish the assignment.", "luganda": "Yasaba bamwongere akadde asobole okumaliriza ekyamuweebwa okukola." }, { "english": "I brought her chocolate as a gift.", "luganda": "Nnamugulira kyokuleeti ne mmumuwa ng'ekirabo." }, { "english": "She planted roses in her compound.", "luganda": "Yasimba ebimuli bya looza mu luggya lwe." }, { "english": "Her father is very important to her.", "luganda": "Taata we mukulu nnyo gy'ali." }, { "english": "Five schools participated in the swimming competition.", "luganda": "Amasomero ataano geetabye mu mpaka z'okuwuga." }, { "english": "She is getting ready for the party.", "luganda": "Yeetegekera kabaga." }, { "english": "The farmer has a small tractor.", "luganda": "Omulimi alina tulakita entono." }, { "english": "Her father always picks her up from school.", "luganda": "Bulijjo taata we amunonako ku ssomero." }, { "english": "They saw mountain gorillas at the zoo.", "luganda": "Baalaba ebisodde eby'omu nsozi mu zzu." }, { "english": "Tourism is an adventure in Uganda.", "luganda": "Eby'obulambuzi bya ttunzi nnyo mu Uganda." }, { "english": "The sword is made of steel.", "luganda": "Ekitala baakikola mu kyuma." }, { "english": "I have great memories of high school.", "luganda": "Waliwo ebintu bingi ebinsanyusa bye nzijukira bwe nnali nga nkyasoma sekendule." }, { "english": "He invited us for tea at his house.", "luganda": "Yatuyita okunywako kacaayi mu maka ge." }, { "english": "The forest has many trees.", "luganda": "Ekibira kirimu emiti mingi." }, { "english": "She waited for her children at the airport.", "luganda": "Abaana be yabalindira ku kisaawe kyennyonyi." }, { "english": "He speaks with a lot of confidence.", "luganda": "Ayogera yeekakasa nnyo." }, { "english": "Some people use their hands to eat food.", "luganda": "Abantu abamu baliisa ngalo." }, { "english": "The police officer is controlling the traffic.", "luganda": "Omupoliisi alungamya entambula y'ebidduka." }, { "english": "He missed the flight.", "luganda": "Ennyonyi yamuleka." }, { "english": "I drink more water during the day.", "luganda": "Nywa nnyo amazzi emisana." }, { "english": "The vehicle is due for service.", "luganda": "Emmotoka yeetaaga okukolebwa saaviisi." }, { "english": "He has some money in his pocket.", "luganda": "Alinamu ssente mu nsawo." }, { "english": "My grandmother is afraid of heights.", "luganda": "Jjajja wange atya ebifo ebigulumivu." }, { "english": "The meeting is about to end.", "luganda": "Olukungaana lunaatera okuggwa." }, { "english": "The photographers were asked to turn off the camera flashlights while shooting.", "luganda": "Abakubi b'ebifaananyi baabagamba okuggyako ebimyanso nga bakuba ebifaananyi." }, { "english": "She was too tired to eat food.", "luganda": "Yali akooye nnyo nga talina na galya mmere." }, { "english": "He is a leader of an international organization.", "luganda": "Mukulembeze mu kibiina ekimu eky'ensi yonna." }, { "english": "She gave him a curious look because she doesn't trust him.", "luganda": "Yamutunuulira amwekengera kubanga tamwesiga." }, { "english": "My mother told me that sharing is caring.", "luganda": "Maama wange yangamba nti okugaba kiraga nti ofaayo ku balala." }, { "english": "He fell and hurt his head.", "luganda": "Yagwa omutwe gwe ne gukosebwa." }, { "english": "The children could not play from outside because of the muddy ground.", "luganda": "Abaana baali tebasobola kuzannyira wabweru kubanga waaliyo ebisooto." }, { "english": "They moved from one village to another looking for food.", "luganda": "Baatambula kyalo ku kyalo nga banoonya mmere." }, { "english": "Police protected him from the angry mob.", "luganda": "Poliisi yamutaasa okuva ku bantu abaali bataamye obugo." }, { "english": "She broke down when they gave her the sad news.", "luganda": "Yatulise n'akaaba bwe baamubuulidde amawulire amabi." }, { "english": "All his wives respect him.", "luganda": "Bakazi be bonna bamussaamu ekitiibwa." }, { "english": "He attacked him with a spear.", "luganda": "Yamulumba n'effumu." }, { "english": "He wanted to talk to the press but they stopped him.", "luganda": "Yali ayagala kwogerako ne bannamawulire naye ne bamugaana." }, { "english": "My mood has changed.", "luganda": "Embeera zange zikyuse." }, { "english": "We started eating food at midday.", "luganda": "Twatandise okulya emmere ku ssaawa mukaaga ez'emisana." }, { "english": "The hall is currently booked.", "luganda": "Ekizimbe waliwo abakyekutte." }, { "english": "Let us listen to the advice from the expert.", "luganda": "Ka tuwulirize amagezi abakugu ge batuwa." }, { "english": "What happens when the goods get spoilt while in transit?", "luganda": "Kiki ekibaawo singa eby'amaguzi byonooneka nga bikyatambuzibwa?" }, { "english": "The teacher is dictating notes for his students.", "luganda": "Omusomesa asomera abayizi be eby'okuwandiika." }, { "english": "The new president was sworn in under heavy security.", "luganda": "Omukulembeze w'eggwanga omupya baamulayizza mu bukuumi obw'amaanyi." }, { "english": "Authorities described the youth as trouble makers.", "luganda": "Ab'obuyinza baagambye nti abavubuka bazzi ba misango." }, { "english": "He was in the hospital for two weeks.", "luganda": "Yamala mu ddwaliro wiiki bbiri." }, { "english": "My sister invited her friends to her wedding.", "luganda": "Mwannyinaze yayita mikwano gye ku mbaga ye." }, { "english": "He was a powerful leader.", "luganda": "Yali mukulembeze wa maanyi." }, { "english": "The accountant was accused of fraud.", "luganda": "Omubalirizi w'ensimbi baamulumiriza okubba ssente." }, { "english": "The speaker requested all community leaders to stand up.", "luganda": "Omwogezi yasaba abakulembeze b'ebitundu bonna okuyimirira." }, { "english": "Her son had planned to take her for a walk.", "luganda": "Mutabani we yali ateeseteese okumutwala batambuleko." }, { "english": "Burundi is a small country.", "luganda": "Burundi nsi ntono." }, { "english": "I believe in God.", "luganda": "Nzikiririza mu Katonda." }, { "english": "They staged a number of protests during his regime.", "luganda": "Waaliwo okwekalakaasa kungi mu kiseera ky'obufuzi bwe." }, { "english": "They committed many crimes during the war.", "luganda": "Baakola ebikolobero bingi mu kiseera ky'olutalo." }, { "english": "The constitution was changed to allow the president to run for another term.", "luganda": "Ssemateeka yakyusibwa okusobozesa omukulembeze w'eggwanga okwesimbawo ekisanja ekirala." }, { "english": "They attended his funeral.", "luganda": "Baaliwo mu kuziikibwa kwe." }, { "english": "Many people have recovered from coronavirus in Uganda.", "luganda": "Abantu bangi mu Uganda baasuuka obulwadde bwa corona." }, { "english": "India had many cases of coronavirus.", "luganda": "Abantu bangi mu Buyindi baalwala obulwadde bwa corona." }, { "english": "He was hospitalized because he couldn't breathe well.", "luganda": "Baamutwala mu ddwaliro olw'okuba yali tassa bulungi." }, { "english": "The medical report was given to the family.", "luganda": "Alipoota y'abasawo baagikwasa ab'omu maka ge." }, { "english": "The hospital beds are full.", "luganda": "Ebitanda mu ddwaliro byali bijjudde." }, { "english": "The university hospital gives first aid to students.", "luganda": "Eddwaliro lya yunivasite liwa abayizi obujjanjabi obusookerwako." }, { "english": "They flew out of the country.", "luganda": "Baafuluma eggwanga nga bagendera mu nnyonyi." }, { "english": "The truck drivers were told to avoid over speeding.", "luganda": "Abavuzi ba biroole baabagamba okwewala okuvuga endiima." }, { "english": "The message was translated into different languages.", "luganda": "Obubaka bwavvunulwa mu nnimi ez'enjawulo." }, { "english": "They restricted access to the laboratory.", "luganda": "Tebakkiriza buli muntu kuyingira mu keberezo." }, { "english": "He sells masks on the streets of Kampala.", "luganda": "Atunda bukookolo ku nguudo z'omu Kampala." }, { "english": "They have a discussion group.", "luganda": "Balina ekibinja eky'okukubaganya ebirowoozo." }, { "english": "He betrayed his country.", "luganda": "Yalya mu nsi ye olukwe." }, { "english": "The results were not accurate.", "luganda": "Ebyava mu kukebera tebyali bituufu." }, { "english": "They took samples of the soil to the laboratory.", "luganda": "Baatwala erimu ku ttaka mu keberezo ." }, { "english": "The health official encouraged residents to practice social distancing.", "luganda": "Ab'eby'obulamu baakubiriza abatuuze okwewanga amabanga." }, { "english": "He took time off to recover from the infection.", "luganda": "Yamala ekiseera nga takola asobole okusuuka obulwadde." }, { "english": "Her parents are in danger.", "luganda": "Bazadde be bali mu kabi." }, { "english": "The vehicle was stolen from him.", "luganda": "Baamubbyeko emmotoka." }, { "english": "Children are forced into child labor to get food.", "luganda": "Abaana bawalirizibwa okukola okusobola okufuna emmere." }, { "english": "Some girls have become pregnant during the lockdown.", "luganda": "Abawala abamu bafunye embuto mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "Young people have lost hope in education.", "luganda": "Abavubuka tebakyalina ssuubi mu bya njigiriza." }, { "english": "Some people sleep hungry because they have no food.", "luganda": "Abantu abamu basula njala olw'okuba tebalina mmere." }, { "english": "His family lived in poverty for over five years", "luganda": "Ab'omu maka gano baali baavu okumala emyaka egisukka mu etaano." }, { "english": "His wife comes from a rich family.", "luganda": "Mukyala we ava mu maka magagga." }, { "english": "Her guardian lost his job during the lockdown.", "luganda": "Amulabirira yafiirwa omulimu gwe mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "Some families are struggling to feed their children.", "luganda": "Abazadde abamu bakisanze nga kizibu okufunira abaana baabwe eky'okulya." }, { "english": "The passengers said the driver seemed to be drunk.", "luganda": "Abasaabaze baagamba nti kirabika ddereeva yali atamidde." }, { "english": "Many children know how to read and write.", "luganda": "Abaana bangi bamanyi okusoma n'okuwandiika." }, { "english": "That priest has appealed to the government to repair the roads in our village.", "luganda": "Omukulembeze w'eddiini asabye gavumenti okudaabiriza enguudo ku kyalo kyaffe." }, { "english": "This landslide was caused by the heavy rains last night.", "luganda": "Okubumbulukuka kw'ettaka kuno kwavudde ku nkuba ey'amaanyi eyatonnye ekiro ekiyise." }, { "english": "Most of the people in that district rely on farming as a source of income.", "luganda": "Abantu abasinga obungi mu disitulikiti eyo ssente ez'okweyimirizaawo baziggya mu bulimi." }, { "english": "The new building at our school has cracks.", "luganda": "Ekizimbe ekipya ku ssomero lyaffe kirimu enjatika." }, { "english": "That house has deep cracks in the walls.", "luganda": "Ennyumba erimu enjatika ez'amaanyi mu bisenge." }, { "english": "The swimming pool for adults is two meters deep.", "luganda": "Ekidiba abantu abakulu mwe bawugira kya mita bbiri obuwanvu." }, { "english": "There is a crack in the windshield of my car.", "luganda": "Endabirwamu ey'omu maaso ey'emmotoka yange erimu enjatika." }, { "english": "This corridor is at least ten meters long.", "luganda": "Olukuubo luno lulina obuwanvu bwa mita nga kkumi." }, { "english": "We have morning prayers at our church.", "luganda": "Ku kkanisa yaffe tuba n'okusaba okw'oku makya." }, { "english": "The residents are worried that the cracks in the soil are a sign of an oncoming landslide.", "luganda": "Abatuuze beeraliikirivu nti enjatika ziraga nti ettaka ligenda kubumbulukuka." }, { "english": "Onions are grown on a large scale in the Southwestern part of Uganda.", "luganda": "Abantu mu bitundu by'ebukiikaddyo eby'ebugwanjuba bwa Uganda balima nnyo obutungulu." }, { "english": "People cut down trees for timber.", "luganda": "Abantu batema emiti okufuna embaawo." }, { "english": "My mother cleared that land to plant maize.", "luganda": "Maama wange yatereeza ekifo ekyo asobole okusimbamu kasooli." }, { "english": "Onions take around four months to mature.", "luganda": "Obutungulu butwala emyezi ng'ena okukula." }, { "english": "The government has donated tree seedlings to many farmers in this country.", "luganda": "Gavumenti ewadde abalimi bangi mu ggwanga lino endokwa z'emiti." }, { "english": "My father has planted three mango trees in his compound.", "luganda": "Taata wange yasimba emiti gy'emiyembe esatu mu luggya lwe." }, { "english": "Landslides are common in mountainous areas because their soils are weak.", "luganda": "Ettaka litera okubumbulukuka mu bitundu by'ensozi olw'okuba ettaka teriba ggumu." }, { "english": "That scientist has studied the history of how rocks were formed for ten years.", "luganda": "Munnassaayansi amaze emyaka kkumi ng'anoonyereza ku ngeri enjazi gye zaakolebwamu." }, { "english": "There was a bad smell of sewage in the whole area when a sewerage pipe burst.", "luganda": "Omudumu gwa kazambi bwe gwayabika ekivundu kyabuna ekitundu kyonna." }, { "english": "The district commissioner confirmed that there is no oil mining in this area.", "luganda": "Omukulembeze mu disitulikiti yakakasa nti tewali basima mafuta mu kitundu." }, { "english": "The mountain will never erupt again.", "luganda": "Olusozi terujja kuddamu kuwanda muliro nate." }, { "english": "Many people lost their property when that mountain erupted.", "luganda": "Abantu bangi baafiirwa ebintu byabwe olusozi olwo bwe lwawanda omuliro." }, { "english": "There is a poor communication network in this area because of the mountain.", "luganda": "Emikutu gy'empuliziganya tegikola bulungi mu kitundu kino olw'olusozi." }, { "english": "There are some corrupt officials in the district court.", "luganda": "Mu kkooti ya disitulikiti mulimu abantu abamu abalya enguzi." }, { "english": "This building will collapse if these cracks are not repaired.", "luganda": "Ekizimbe kino kijja kugwa singa enjatika zino tezidaabirizibwa." }, { "english": "There is a waterfall on that mountain.", "luganda": "Olusozi olwo luliko ekiyiririro ky'amazzi." }, { "english": "These slopes have fertile soil which is good for farming.", "luganda": "Ku mmabbali g'olusozi olwo ettaka ggimu era libazza bulungi ebirime." }, { "english": "Trees hold the soil particles firmly together to avoid cracks that may cause a landslide.", "luganda": "Emiti gikwata ne ginyweza ettaka okwewala enjatika eziyinza okuvaako okubumbulukuka kw'ettaka." }, { "english": "The soil in this area is sandy.", "luganda": "Ettaka mu kitundu kino lya musenyu." }, { "english": "That district has no official headquarters.", "luganda": "Disitulikiti terina kitebe kikulu kitongole." }, { "english": "She was very angry with her landlord for disconnecting the electricity in her house.", "luganda": "Yanyiigira nnyo landiloodi we olw'okumusalako amasannyalaze." }, { "english": "The locals complained that the government has not helped the flood victims.", "luganda": "Abatuuze beemulugunya nti gavumenti teyambye baakosebwa mataba." }, { "english": "Our house was one of those that were destroyed in the landslide.", "luganda": "Ennyumba yaffe y'emu ku ezo ezaasaanawo mu kubumbulukuka kw'ettaka." }, { "english": "The manager hasn't given me feedback about the project proposal I submitted last week.", "luganda": "Maneja tannanziramu ku bikwata ku kiteeso ekikwata ku projekiti kye nnawaayo wiiki ewedde." }, { "english": "I was stranded when my landlord ordered me to leave his house.", "luganda": "Nnasoberwa landiroodi bwe yangamba okuva mu nnyumba ye." }, { "english": "I didn't want to live with my brother because it would inconvenience his family.", "luganda": "Nnali saagala kugenda kubeera na muganda wange kubanga kyandimazeeko ab'omu maka ge emirembe." }, { "english": "The flood victims have agreed to move to a resettlement camp in a nearby district.", "luganda": "Abaakosebwa amataba bakkiriza okusengukira mu nkambi emu mu disitulikiti eriraanyeewo." }, { "english": "My father plans to build our family house on the plot of land he bought yesterday.", "luganda": "Taata wange ateekateeka kuzimba ennyumba mwe tunaabeera ku poloti gye yaguze jjo." }, { "english": "My sister has refused to shift to a new house.", "luganda": "Mwanyinaze agaanye okusengukira mu nnyumba empya." }, { "english": "The landslide victims refused to leave this area because their relatives are buried there.", "luganda": "Abaakosebwa amataba baagaana okuva mu kitundu ekyo olw'okuba ab'enganda zaabwe baali baziikiddwa eyo." }, { "english": "The prime minister sent ten million Ugandan shillings to support the family of his late driver.", "luganda": "Ssaabaminisita yaweereza obukadde kkumi okuyamba ab'omu maka ga ddereeva we eyafa." }, { "english": "Some government officials have come to assess the damage done by the landslide.", "luganda": "Abakungu ba gavumenti abamu bazze okulaba ebintu ebyayonoonebwa okubumbulukuka kw'ettaka." }, { "english": "Some of the locals have been relocated to another area because of the floods.", "luganda": "Abatuuze abamu baasengulwa ne batwalibwa mu kitundu ekirala olw'amataba." }, { "english": "My brother stays with me because he got evicted from his house.", "luganda": "Muganda wange abeera nange olw'okuba baamugoba mu nnyumba ye." }, { "english": "That man is an accountant by profession.", "luganda": "Omusajja oyo yasomerera bya kubala ssente." }, { "english": "That minister has advised the government to purchase land for the resettlement of the flood victims.", "luganda": "Minisita oyo yawa gavumenti amagezi okugula ettaka ery'okusengulirako abaakosebwa amataba." }, { "english": "She refused to participate in the company's inter-departmental sports activities.", "luganda": "Yagaana okwetaba mu mizannyo gy'ebitongole bya kampuni." }, { "english": "The landlord advised him to live somewhere else until the renovations on his house are complete.", "luganda": "Landiroodi yamugamba okugira ng'afuna awalala w'abeera okutuusa ng'amaze okudaabiriza ennyumba ye." }, { "english": "The deceased's relatives chased his children out of the house.", "luganda": "Ab'enganda z'omugenzi baagoba abaana be mu nnyumba." }, { "english": "I went to live with my sister because my house was destroyed by the fire.", "luganda": "Nnagenda okubeera ne muganda wange olw'okuba ennyumba yange yasaanyizibwawo omuliro." }, { "english": "The government distributed posho and beans to the less privileged citizens during the pandemic.", "luganda": "Gavumenti yagabira abantu abaavu akawunga n'ebijanjaalo mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "The people have accused their leaders of embezzling the relief funds meant to help them through the pandemic.", "luganda": "Abantu balumiriza abakulembeze baabwe olw'okubulankanya ssente ezaaweebwayo okubayamba mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "Many people in this area will be buried by the landslide if they do not relocate.", "luganda": "Abantu bangi mu kitundu kino bajja kubuutikirwa ettaka singa tebakivaamu." }, { "english": "Scientists have discovered that this mountain is over twenty million years old.", "luganda": "Bannasaayansi bakizudde nti olusozi luno lumazeewo emyaka egisukka mu bukadde abiri." }, { "english": "These landslides occurred in the Eastern region of the country.", "luganda": "Okubumbulukuka kw'ettaka kwali mu kitundu ky'ebuvanjuba bw'eggwanga." }, { "english": "That mountain is surrounded by a dense forest.", "luganda": "Olusozi lw'etooloddwa ekibira ekikutte." }, { "english": "Mountain Elgon is located on the border of Uganda and Kenya.", "luganda": "Olusozi lwa Elgon lusangibwa ku nsalo ya Uganda ne Kenya." }, { "english": "There have been at least twenty landslides in that area in the past one hundred years.", "luganda": "Wabaddewo okubumbulukuka kw'ettaka kwa mirundi nga makumi abiri mu myaka ekikumi egiyise." }, { "english": "Twenty people were buried in the landslide.", "luganda": "Abantu amakumi abiri baabikkibwa ettaka eryabumbulukuka." }, { "english": "There has not been a landslide in this area for ten years.", "luganda": "Mu myaka kkumi egiyise tewabaddeewo kubumbulukuka kwa ttaka mu kitundu kino." }, { "english": "The number of deaths related to the landslide is high because this area is overpopulated.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu abafiiridde mu kubumbulukuka kw'ettaka guli waggulu kubanga ekitundu kirimu abantu bangi nnyo." }, { "english": "The people in that area circumcise young boys as part of their culture.", "luganda": "Abantu mu kitundu ekyo bakomola abalenzi abato nga bagoberera obuwangwa bwabwe." }, { "english": "The wedding committee wanted to know how she spent the money on food.", "luganda": "Akakiiko akaategeka embaga kaayagala okumanya engeri gye yakozesaamu ssente z'emmere." }, { "english": "The school management has set aside twenty million Ugandan shillings to fund the annual sports day.", "luganda": "Abakulembeze b'essomero bataddewo obukadde abiri ez'okukozesa okutegeka empaka z'emizannyo ezibaawo buli mwaka." }, { "english": "Our manager gave a brief report about the company to the sponsors during the meeting.", "luganda": "Mu lukungaana maneja waffe yawadde abavujjirizi alipoota enyimpimpi ekwata ku kampuni." }, { "english": "That waitress insisted that she did not receive any money from the customer.", "luganda": "Aweereza eby'okulya yagamba nti kasitoma yali tannamuwa ssente." }, { "english": "My husband gives me money every Saturday to buy home foodstuffs.", "luganda": "Buli lwa Mukaaga omwami wange ampa ssente ez'okugula emmere y'awaka." }, { "english": "The car bond owner agreed that I can pay for the car in five installments.", "luganda": "Nnanyini kibanda kya mmotoka yanzikiriza okusasulira emmotoka mu bitundutundu bya mirundi etaano." }, { "english": "That orphanage did not receive any donations during the pandemic.", "luganda": "Ekifo we bakuumira bamulekwa tekyafuna buyambi bwa nsimbi bwonna mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "This hospital pays doctors according to the number of patients they treat in a month.", "luganda": "Eddwaliro lino abasawo libasasula okusinziira ku balwadde bameka be bajjanjabye mu mwezi." }, { "english": "I spend my salary on rent and food.", "luganda": "Omusaala gwange guggweera mu kusasula nnyumba na kugula mmere." }, { "english": "Some people are complaining that the government doesn't support local football clubs.", "luganda": "Abantu abamu beemulugunya nti gavumenti tewagira kiraabu za mupiira za wano." }, { "english": "We used some of the money to pay the caterer at our wedding.", "luganda": "Ezimu ku ssente twazikozesa okusasula omufumbi w'emmere ku mbaga yaffe." }, { "english": "The government promised to give the national football team fifty million Ugandan shillings.", "luganda": "Gavumenti yasuubiza okuwa ttiimu y'eggwanga ey'omupiira obukadde ataano." }, { "english": "Some of this money will be deducted as a transaction charge.", "luganda": "Ezimu ku ssenti ezo zijja kuggibwako ng'ebisale by'empeereza." }, { "english": "The government will not release funds for repairing this road.", "luganda": "Gavumenti tejja kuwaayo ssente za kudaabiriza luguudo luno." }, { "english": "Some of the people have not received the money that the government promised to give them.", "luganda": "Abantu abamu tebaafuna ssente gavumenti ze yasuubiza okubawa." }, { "english": "That country has reported an increase in the number of coronavirus patients.", "luganda": "Omuwendo gw'abalwadde ba corona gweyongedde mu ggwanga." }, { "english": "I was so upset when I tested positive for coronavirus.", "luganda": "Kyammalamu nnyo amaanyi bwe banzuulamu obulwadde bwa corona." }, { "english": "My daughter sings in the church choir every Sunday.", "luganda": "Muwala wange ayimba mu kwaya y'ekkanisa buli lwa Ssande." }, { "english": "There are over forty coronavirus patients in this hospital.", "luganda": "Eddwaliro lino lirimu abalwadde ba corona abasukka mu ana." }, { "english": "My father was taken into quarantine so that he wouldn't infect the rest of the family.", "luganda": "Taata wange baamwawula aleme kusiiga balala waka bulwadde." }, { "english": "The president encouraged the citizens to stay home so as to protect themselves against coronavirus.", "luganda": "Pulezidenti yakubiriza abantu okusigala awaka beewale okukwatibwa obulwadde bwa corona." }, { "english": "That building is guarded by ten police officers.", "luganda": "Ekizimbe ekyo kikuumibwa abasirikale ba poliisi kkumi." }, { "english": "Most of the people in this country use taxis to go to work.", "luganda": "Abantu abasinga obungi mu ggwanga bakozesa takisi okugenda ku mulimu." }, { "english": "I went to the supermarket to buy milk.", "luganda": "Nnagenda ku ssemaduuka okugula amata." }, { "english": "The baker used a motorcycle to deliver my birthday cake because of traffic jam.", "luganda": "Eyafumba keeki y'amazaalibwa gange yagireeta akozesa pikipiki olw'akalippagano k'ebidduka." }, { "english": "She drives her car to work every day.", "luganda": "Avuga mmotoka ye okugenda ku mulimu buli lunaku." }, { "english": "The president promised that the government would support the vulnerable poor citizens during the pandemic.", "luganda": "Pulezidenti yasuubiza nti gavumenti ejja kuyamba abaavu mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "She packed all the clothes in her boutique yesterday.", "luganda": "Yazinzeeko engoye zonna mu dduuka ly'engoye lye jjo." }, { "english": "The furniture store did not operate during the lockdown.", "luganda": "Edduuka ly'ebibajje teryakola mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "This donation will help single mothers who cannot afford to take care of their families.", "luganda": "Ssente zino ezaaweebwayo zijja kuyamba bamaama abali obw'omu abatasobola kulabirira baana baabwe." }, { "english": "My poultry business made losses during the pandemic.", "luganda": "Bizineesi y'enkoko yakola loosi mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "The village chairperson submitted a list of the vulnerable people who are eligible to receive the relief funds.", "luganda": "Ssentebe w'ekyalo yawaddeyo amannya g'abantu abagwana okuweebwa ssente z'obuyambi." }, { "english": "That Member of Parliament contributed fifty million Ugandan shillings towards the construction of the new hospital.", "luganda": "Omubaka wa palamenti oyo yawaayo obukadde bwa ssente za Uganda ataano okuyambako mu kuzimba eddwaliro eppya." }, { "english": "We had to reduce our wedding guest list to twenty people because of the pandemic.", "luganda": "Twalina okukendeeza omuwendo gw'abantu ab'okuba ku mbaga yaffe okutuuka ku bantu abiri olw'ekirwadde." }, { "english": "The patient started showing symptoms of coronavirus four days after exposure.", "luganda": "Omulwadde yatandika okulaga obubonero bw'obulwadde bwa corona nga wayise ennaku nnya oluvannyuma lw'okumukwata." }, { "english": "We called an ambulance to rush my wife to the hospital when she was in labor.", "luganda": "Twayita ambyulensi okuddusa mukyala wange mu ddwaliro ebisa bwe byali bimuluma." }, { "english": "The government appointed this committee to assist the landslide victims.", "luganda": "Gavumenti yassawo akakiiko kano okuyamba abantu abaakosebwa okubumbulukuka kw'ettaka." }, { "english": "That hospital operates day and night because it receives many patients.", "luganda": "Eddwaliro eryo likola kiro na misana olw'okuba lifuna abalwadde bangi." }, { "english": "The ambulance driver was arrested for taking money from patients before taking them to the hospital.", "luganda": "Omuvuzi wa ambyulensi yakwatibwa olw'okuba yaggyanga ssente ku balwadde nga tannabatwala mu ddwaliro." }, { "english": "The president criticized our district chairperson for slapping one of the other district officials.", "luganda": "Pulezidenti yavumiridde ssentebe wa disitulikiti yaffe olw'okukuba oluyi omu ku bakulembeze ba disitulikiti abalala." }, { "english": "The police has direct orders from the president to arrest anybody found moving at night.", "luganda": "Pulezidenti yalagira poliisi okukwata omuntu yenna asangibwa ng'atambula ekiro." }, { "english": "Coronavirus can be spread through handshakes.", "luganda": "Obulwadde bwa corona busobola okusaasaanira mu kwekwata mu ngalo." }, { "english": "Doctors are required to wear gloves when examining patients.", "luganda": "Abasawo balina okwambala ggiraavu nga bakebera abalwadde." }, { "english": "My mother bought two pineapples from the market.", "luganda": "Maama wange yagula enaanaasi bbiri okuva mu katale." }, { "english": "Markets remained open during the lockdown so that people could buy food.", "luganda": "Obutale bwasigala buggule mu kiseera ky'omuggalo abantu basobole okugula emmere." }, { "english": "That hospital has run out of face masks for doctors.", "luganda": "Eddwaliro eryo terikyalina bukookolo bwa basawo." }, { "english": "The nurse was scared to treat the patient because she thought that she would contract coronavirus.", "luganda": "Omusawo yatya okujjanjaba omulwadde kubanga yalowooza nti ayinza okukwatibwa obulwadde bwa corona." }, { "english": "Doctors should wear face masks and gloves to protect themselves against coronavirus.", "luganda": "Abasawo balina okwambala obukookolo ne ggiraavu okwekuuma obutakwatibwa bulwadde bwa corona." }, { "english": "Testing a large group of coronavirus patients at once causes infection of those who are negative.", "luganda": "Okukebera abantu bangi corona omulundi gumu kireetera n'abatalina bulwadde obwo okubukwatibwa." }, { "english": "Curfew starts at seven o'clock in the evening.", "luganda": "Kafiyu atandika saawa emu ez'akawungeezi." }, { "english": "The president said that private vehicles should carry only two passengers.", "luganda": "Pulezidenti yagambye nti emmotoka ez'obwannanyini zirina kubaamu bantu babiri bokka." }, { "english": "My brother's car was confiscated by the police because he was driving while drunk.", "luganda": "Emmotoka ya muganda wange poliisi yagikwata olw'okuba yali avuga atamidde." }, { "english": "She followed the doctor's instructions and started eating more fruits.", "luganda": "Yakolera ku magezi g'abasawo n'ayongera ku bibala by'alya." }, { "english": "She slapped her husband out of anger.", "luganda": "Yakuba omwami we oluyi olw'okuba yali asunguwadde." }, { "english": "Some officials use government vehicles for leisure purposes.", "luganda": "Abakungu ba gavumenti abamu bakozesa mmotoka za gavumenti mu byabwe." }, { "english": "The doctors showed us how to properly wear face masks for full protection against coronavirus.", "luganda": "Abasawo baatulaga engeri y'okwambalamu obulungi obukookolo okufuna obukuumi mu bujjuvu." }, { "english": "That man is the police spokesperson in this region.", "luganda": "Omusajja oyo ye mwogezi wa poliisi mu kitundu." }, { "english": "That man was arrested for stealing my phone.", "luganda": "Omusajja oyo baamukwata olw'okubba essimu yange." }, { "english": "One of the witnesses told the police that the accident happened at midnight.", "luganda": "Omu ku bajulizi yagambye poliisi nti akabenje kaaguddewo kiro." }, { "english": "That police officer disobeyed the president's orders by not wearing a mask while talking to me.", "luganda": "Omupoliisi yajeemedde ebiragiro bya pulezidenti bwe yayogedde nange nga tayambadde kakookolo." }, { "english": "There will be a meeting for all district officials on Friday.", "luganda": "Wajja kubaawo olukungaana lw'abakulembeze ba disitulikiti bonna ku Lwokutaano." }, { "english": "The residents were surprised when the district chairperson told them to ignore the president's orders.", "luganda": "Abatuuze beewuunyizza ssentebe wa disitulikiti bwe yabagambye obutagondera biragiro bya pulezidenti." }, { "english": "She has not played netball in three months because of the injury on her shoulder.", "luganda": "Amaze emyezi esatu nga tazannya muzannyo gwa kubaka olw'okuba yakosebwa ekibegaabega." }, { "english": "The national basketball competitions will start on Friday.", "luganda": "Empaka z'eggwanga ez'ensero zijja kutandika ku Lwokutaano." }, { "english": "Today's football match ended without any injuries.", "luganda": "Omuzannyo gw'omupiira leero gwawedde tewali afunye buvune." }, { "english": "My parents are coming back from the village next week.", "luganda": "Bazadde bange bakomawo okuva mu kyalo wiiki ejja." }, { "english": "That team is in the third position in the national football league.", "luganda": "Ttiimu eyo eri mu kya kusatu mu liigi y'eggwanga ey'omupiira." }, { "english": "The opponent's football team has fifteen players.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira gye tuvuganya nayo erina abazannyi kkumi na bataano." }, { "english": "The coach asked all the football players to run three laps around the field.", "luganda": "Omutendesi yalagidde abazannyi b'omupiira bonna okudduka beetooloole ekisaawe emirundi esatu." }, { "english": "That team has substituted players three times during this netball game.", "luganda": "Ttiimu y'okubaka eyo ekyusizza abazannyi emirundi esatu mu luzannya luno." }, { "english": "My mother stood behind me in the line at the bank.", "luganda": "Maama wange yasimbye mabega wange mu lunyiriri ku bbanka." }, { "english": "My daughter was the twelfth student to arrive at the school yesterday.", "luganda": "Muwala wange yabadde wa kkumi na babiri ku baana abaasoose okutuuka ku ssomero jjo." }, { "english": "There is a football match between the two best teams in this league tonight.", "luganda": "Ttiimu ezisinga amaanyi mu liigi zigenda kukwatagana leero." }, { "english": "My brother plays for the local football team.", "luganda": "Muganda wange azannyira ttiimu y'omupiira ey'omu kitundu." }, { "english": "Football supporters will have to watch this season's league from their homes.", "luganda": "Abawagizi b'omupiira liigi ya sizoni eno bajja kugirabira waka." }, { "english": "That football player will return to the field after three months of suspension.", "luganda": "Omuzannyi w'omupiira oyo ajja kudda mu kisaawe oluvannyuma lw'emyezi esatu egy'okuwerebwa kwe nga giweddeko." }, { "english": "There are no people in this building.", "luganda": "Ekizimbe kino tekiriimu bantu." }, { "english": "I found my brother playing a football game on his computer.", "luganda": "Nnasanze muganda wange ng'azannya omuzannyo gw'omupiira ku kompyuta ye." }, { "english": "The fans shouted in excitement when that player scored his third goal.", "luganda": "Abawagizi baakubye enduulu omuzannyi bwe yateebye ggoolo ye ey'okusatu." }, { "english": "All the football players who were not on the field were expected to wear masks and gloves.", "luganda": "Abazannyi b'omupiira bonna abaabadde batazannya baabadde balina okwambala obukookolo ne ggiraavu." }, { "english": "The rioters dispersed when the police arrived.", "luganda": "Abeekalakaasi baabunye emiwabo nga poliisi etuuse." }, { "english": "That football club was founded one hundred thirty years ago.", "luganda": "Kiraabu y'omupiira eyo yatandikibwawo emyaka kikumi mu asatu emabega." }, { "english": "My brother wore a t-shirt of his favorite football team.", "luganda": "Muganda wange yayambadde ssaati ya ttiimu y'omupiira gy'asinga okwagala." }, { "english": "Our family holds prayers in honor of our deceased mother every year.", "luganda": "Buli mwaka awaka tuba n'okusaba okw'okujjukira maama waffe eyafa." }, { "english": "We all clapped for the manager for the good work she has been doing in the restaurant.", "luganda": "Ffenna twakubidde maneja mu ngalo olw'emirimu emirungi gy'abadde akola mu wooteeri." }, { "english": "That player was replaced during the match because he was tired.", "luganda": "Omuzannyi baamuggyeemu ne bayingiza omulala olw'okuba yabadde akooye." }, { "english": "The entire team is very happy about winning the international football league.", "luganda": "Ttiimu yonna nsanyufu olw'okuwangula liigi y'ensi yonna." }, { "english": "That man beat his daughter until she fainted.", "luganda": "Omusajja oyo yakuba muwala we okutuusa lwe yazirika." }, { "english": "Our mission is to support single mothers to start small businesses to support themselves.", "luganda": "Ekiruubirirwa kyaffe kya kuyamba bamaama abali obw'omu okutandikawo bizineesi entono okweyimirizaawo." }, { "english": "That bank has over fifty branches across the country.", "luganda": "Bbanka eyo erina amatabi agasukka mu ataano okwetooloola eggwanga." }, { "english": "The organization distributed food to the vulnerable people in the community.", "luganda": "Ekibiina kyagabira abantu abaavu emmere." }, { "english": "Some children do not have food to eat because their parents are poor.", "luganda": "Abaana abamu tebalina mmere ya kulya kubanga bazadde baabwe baavu." }, { "english": "That company has donated ten thousand masks to the government.", "luganda": "Kampuni ewadde gavumenti obukookolo omutwalo gumu." }, { "english": "She submitted the house plans to her client yesterday.", "luganda": "Yawadde kasitoma we pulaani y'ennyumba jjo." }, { "english": "The photographer took a picture of the children while they were on their way to school.", "luganda": "Omukubi w'ebifaananyi yakubye abaana ekifaananyi nga bagenda ku ssomero." }, { "english": "That organization aims to support children who dropped out of school during the pandemic.", "luganda": "Ekibiina ekyo kirina ekiruubirirwa eky'okuyamba abaana abaawanduka mu ssomero mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "Many families lost their loved ones to coronavirus.", "luganda": "Abantu bangi ekirwadde kya corona kyatta abantu baabwe." }, { "english": "The students need computers to access their online lessons.", "luganda": "Abayizi beetaaga kompyuta okusobola okulaba bye babasomesa ku ssomero." }, { "english": "Many people were left jobless during the pandemic.", "luganda": "Abantu bangi baafiirwa emirimu mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "That foundation supports widows and orphans.", "luganda": "Ekibiina ekyo kiyamba bannamwandu ne bamulekwa." }, { "english": "This project is being implemented in seventy countries.", "luganda": "Projekiti eno egenda mu maaso mu mawanga nsanvu." }, { "english": "There was an increase in the number of domestic violence cases reported during the lockdown.", "luganda": "Obukuubagano mu maka bweyongera okulinnya mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "The government has requested for donations to purchase coronavirus vaccines.", "luganda": "Gavumenti esabye obuyambi bwa ssente esobole okugula eddagala ly'okugema ekirwadde kya corona." }, { "english": "My wife may die if she does not get a blood transfusion in time.", "luganda": "Mukyala wange ayinza okufa singa tateekebwako musaayi mu budde." }, { "english": "My daughter needs a blood transfusion urgently because she is severely anemic.", "luganda": "Muwala wange yeetaaga okuteekebwako omusaayi mu bwangu kubanga omusaayi gumuweddemu." }, { "english": "The hospital needs blood to transfuse these car accident victims.", "luganda": "Eddwaliro lyetaaga omusaayi ogw'okuteeka ku bantu bano abagudde ku kabenje k'emmotoka." }, { "english": "There will be a blood donation drive at the school playground tomorrow.", "luganda": "Wajja kubaawo okugaba omusaayi mu kisaawe ky'essomero enkya." }, { "english": "I have never donated blood.", "luganda": "Sigabanga ku musaayi." }, { "english": "Blood can be stored in a medically approved refrigerator for up to thirty five days.", "luganda": "Omusaayi gusobola okukuumirwa mu firiigi etuukana n'omutindo gw'eby'obujanjabi okumala ennaku asatu mu ttaano." }, { "english": "My father was transfused with artificial blood while the doctors tried to find a suitable donor for him.", "luganda": "Taata wange baamussaamu omusaayi omukolerere ng'abasawo bwe bakyanoonya ani eyali ayinza okugaba omusaayi ogusobola okumussibwamu." }, { "english": "I donated blood for my sister because we have the same blood group.", "luganda": "Nnawaayo omusaayi guteekebwe mu muganda wange olw'okuba omusaayi gwange n'ogugwe gigwa mu kiti kimu." }, { "english": "My sister works in a hospital laboratory.", "luganda": "Muganda wange akola mu keberezo ly'eddwaliro." }, { "english": "Pregnant women are not allowed to donate blood.", "luganda": "Abakazi b'embuto tebakkirizibwa kugaba musaayi." }, { "english": "My neighbor lost a lot of blood during labor which led to her death.", "luganda": "Muliraanwa wange yavaamu omusaayi mungi nnyo ng'azaala n'atuuka n'okufa." }, { "english": "She thanked the firefighters who saved her life.", "luganda": "Yasiima nnyo abazikiza omuliro abaawonya obulamu bwe." }, { "english": "There were drops of blood on my shirt after the nosebleed.", "luganda": "Amatondo g'omusaayi gaagwa ku ssaati yange bwe nneerumika." }, { "english": "Very few people donated blood last year.", "luganda": "Abantu batono nnyo abaagaba omusaayi omwaka oguyise." }, { "english": "Doctors have encouraged the youth in this area to donate blood at least once a year.", "luganda": "Abasawo bakubirizza abavubuka mu kitundu kino okugaba omusaayi waakiri omulundi gumu mu mwaka." }, { "english": "Some of my friends think that my mother-in-law is pretending to help me so that she can spy on my family.", "luganda": "Abamu ku mikwano gyange balowooza nti nnyazaala wange yeefuula annyamba asobole okuketta amaka gange." }, { "english": "This new road has eased the transportation of farmers' goods to the market.", "luganda": "Oluguudo luno olupya lukifudde kyangu eri abalimi okutambuza ebirime byabwe okutuuka mu katale." }, { "english": "I inherited this plot of land from my late father.", "luganda": "Nnasikira poloti y'ettaka okuva ku taata wange eyafa." }, { "english": "The building housing the office of the president was built by a Chinese company.", "luganda": "Ekizimbe omusangibwa ofiisi ya pulezidenti kyazimbibwa kampuni y'Abacayina." }, { "english": "The Chinese government has donated a lot of money towards infrastructure development in Africa.", "luganda": "Gavumenti ya China ewaddeyo ssente nnyingi mu kuzimba enguudo n'ebizimbe mu Afirika." }, { "english": "Some Americans have insisted that the coronavirus is a chemical weapon manufactured by the Chinese.", "luganda": "Abamerika abamu bakiremeddeko nti Abakyayina be baakola ekirwadde kya corona." }, { "english": "Those two construction companies are competing for a contract to build the new road.", "luganda": "Kampuni ezo ebbiri enzimbi zivuganya ku kontulakiti ey'okuzimba oluguudo olupya." }, { "english": "The government has encouraged its citizens to work hard and make money instead of participating in riots.", "luganda": "Gavumenti ekubirizza abantu baayo okukola ennyo bafune ssente mu kifo ky'okudda mu by'okwekalakaasa." }, { "english": "The Chinese government insisted that they did not manufacture the coronavirus to attack America.", "luganda": "Gavumenti ya China yeegaana nti teyakola kirwadde kya corona kulumba Amerika." }, { "english": "Other countries are not interested in the war between China and America.", "luganda": "Amawanga amalala tegaagala kweyingiza mu lutalo wakati wa China ne Amerika." }, { "english": "Her husband accused her of stealing money from his wallet.", "luganda": "Omwami we yamulumiriza nti yabba ssente mu kasawo ke ak'ensimbi." }, { "english": "Some of the older students at school like bullying the younger ones.", "luganda": "Abamu ku bayizi b'essomero abakulu baagala nnyo okutiisatiisa abayizi abato." }, { "english": "My mother sent my brother to spy on me at the party.", "luganda": "Maama wange yatuma muganda wange okunketta ku kabaga." }, { "english": "There is an army barracks in that village.", "luganda": "Waliwo enkambi y'amagye ku kyalo." }, { "english": "Uganda was colonized by the British for sixty-eight years before she got her independence.", "luganda": "Uganda yafugibwa Bungereza okumala emyaka nkaaga mu munaana nga tennafuna bwetwaze." }, { "english": "That organization sent spies to our company to find out if we are competing against them.", "luganda": "Ekibiina ekyo kyasindika abakessi okujja mu kampuni yaffe kisobole okuzuula obanga tubavuganya ." }, { "english": "That opposition party is funded by a big international organization.", "luganda": "Ekibiina ky'obufuzi ekyo kivujjirirwa ekibiina eky'ensi yonna." }, { "english": "The rebels fought hard to overthrow the dictator who was oppressing his citizens.", "luganda": "Abayeekera baalwana nnyo okuggya nnakyemalira mu ntebe olw'okuba yali anyigiriza abantu b'afuga." }, { "english": "That country has set tough conditions for us to achieve before we can receive a donation from them.", "luganda": "Eggwanga eryo litaddewo obukwakulizo bwa maanyi bwe tulina okutuukiriza nga terinnatuwa buyambi." }, { "english": "She reported her husband to her family because he was forcing her to change her religion.", "luganda": "Yaloopa omwami we eri ab'enganda ze olw'okuba yali amukaka okukyusa eddiini." }, { "english": "The neighboring countries will be affected economically if a war broke out in this country.", "luganda": "Amawanga agaliraanyeewo gajja kukosebwa mu by'enfuna singa olutalo lubalukawo mu nsi eno." }, { "english": "The company director has been spying on the employees for a long period of time.", "luganda": "Dayirekita wa kampuni amaze ebbanga ddene ng'aketta abakozi." }, { "english": "That country is one of the most prosperous countries in the world.", "luganda": "Eggwanga eryo lye limu ku mawanga agasinga obugagga mu nsi." }, { "english": "Our company is targeting fresh graduates for the new jobs.", "luganda": "Kampuni yaffe enoonya bantu abaakamaliriza emisomo okuweebwa emirimu emipya mu kampuni." }, { "english": "Some people in rural areas do not receive good health care.", "luganda": "Abantu abamu mu byalo tebafuna bujjanjabi bulungi." }, { "english": "My mother raises money for our school fees by selling bananas from her farm.", "luganda": "Maama wange afuna ssente za fiizi zaffe ng'atunda amatooke okuva mu lusuku lwe." }, { "english": "Some of the roads in this country are in a bad condition.", "luganda": "Enguudo ezimu mu ggwanga ziri mu mbeera mbi." }, { "english": "Her family condemned her for getting pregnant when she is still in school.", "luganda": "Ab'omu maka mw'ava baamunenyezza nnyo olw'okufuna olubuto ng'akyasoma." }, { "english": "We can preserve the environment by planting trees.", "luganda": "Tusobola okukuuma obutonde nga tusimba emiti." }, { "english": "That is the journalist who wrote the article about our village.", "luganda": "Oyo ye munnamawulire eyawandiika ekitundu ekikwata ku kyalo kyaffe." }, { "english": "Many taxi drivers are not following the president's directive of carrying only eight passengers.", "luganda": "Abavuzi ba takisi bangi tebagondera kiragiro kya pulezidenti eky'okutikka abasaabaze munaana bokka." }, { "english": "The police have set up a roadblock to track the prisoner who escaped from jail.", "luganda": "Poliisi etaddewo emiziziko mu nguudo okusobola okukwata omusibe eyadduse mu kkomera." }, { "english": "That motorcycle rider was arrested for carrying two passengers.", "luganda": "Omuvuzi wa pikipiki oyo baamukwata lwa kutikka basaabaze babiri." }, { "english": "I took a picture with my parents at my graduation ceremony.", "luganda": "Ku mukolo gw'amatikkira gange nneekubya ekifaananyi ne bazadde bange." }, { "english": "Any taxis found carrying more than eight passengers will be impounded by the police.", "luganda": "Takisi yonna esangibwa ng'etisse abasaabaze abasukka mu munaana poliisi ejja kugikwata." }, { "english": "He photographed the police officers during the training.", "luganda": "Yakuba abasirikale ba poliisi ebifaananyi mu kutendekebwa." }, { "english": "All passengers in taxis are required to wear face masks.", "luganda": "Abasaabaze bonna mu ttakisi balina okwambala obukookolo." }, { "english": "The president's swearing-in ceremony will be held on Friday.", "luganda": "Omukolo ogw'okulayiza pulezidenti gujja kubaawo ku Lwokutaano." }, { "english": "The deceased was fifty five years old.", "luganda": "Omugenzi yabadde alina emyaka ataano mu etaano." }, { "english": "Our district Member of Parliament promised to repair the broken bridge during his campaigns.", "luganda": "Bwe yali anoonya akalulu omubaka wa palamenti owa disitulikiti yasuubiza okudaabiriza olutindo olwamenyeka." }, { "english": "There will be a fifteen minute interval between these two court cases.", "luganda": "Wajja kubaawo okuwummulamu kwa ddakiika kkumi na ttaano wakati w'okuwulira emisango egyo ebiri." }, { "english": "The new Members of Parliament will be sworn in today.", "luganda": "Ababaka ba palamenti abapya bajja kulayizibwa leero." }, { "english": "The president of that country has passed away.", "luganda": "Omukulembeze w'eggwanga yafudde." }, { "english": "She has been the president of this country for fifteen years.", "luganda": "Abadde pulezidenti w'eggwanga lino okumala emyaka kkumi n'etaaano." }, { "english": "Many people lost their lives in the rebellion against the ruling government.", "luganda": "Abantu bangi baafiirwa obulamu bwabwe nga beekalakaasa okuwakanya gavumenti eriko." }, { "english": "The opposition political parties are worried that the ruling party may win the elections.", "luganda": "Ab'ebibiina ebivuganya gavumenti beeraliikirivu nti ekibiina ekiri mu buyinza kiyinza okuwangula okulonda." }, { "english": "That organization fights for the rights of the oppressed citizens of this country.", "luganda": "Ekibiina kirwanirira eddembe ly'abantu mu ggwanga abanyigirizibwa." }, { "english": "She has decided not to contest for school head prefect.", "luganda": "Asazeewo obuteesimbawo ku kifo kya head prefect w'essomero." }, { "english": "My son is a big fan of this musician.", "luganda": "Mutabani wange ayagala nnyo omuyimbi ono." }, { "english": "My grandfather chose his second son to take over his poultry business.", "luganda": "Jjajja wange omusajja yalonda mutabani we ow'okubiri okuddukanya bizineesi ye ey'okulunda enkoko." }, { "english": "The king has chosen his eldest son to be his heir.", "luganda": "Kabaka alonze mutabani we asinga obukulu okuba omusika we." }, { "english": "The manager of that bank has been accused of fraud.", "luganda": "Maneja wa bbanka bamulumiriza okubba ssente." }, { "english": "The new company manager is more understanding than the former one.", "luganda": "Maneja wa kampuni omupya mutegeevu okusinga avuddeko." }, { "english": "That man escaped from the rebels this morning.", "luganda": "Omusajja oyo yatolose ku bayeekera enkya ya leero." }, { "english": "My sister is in trouble for dodging school today.", "luganda": "Muganda wange ali mu buzibu olw'okuba teyagenze ku ssomero leero." }, { "english": "That country has a population of twelve million people.", "luganda": "Eggwanga eryo lirimu abantu obukadde kkumi na bubiri." }, { "english": "We announced our father's death over the radio.", "luganda": "Twayitidde ku leediyo okulanga okufa kwa taata waffe." }, { "english": "That country has pledged to support our new president in his service.", "luganda": "Eggwanga eryo lyeyamye okuyambako pulezidenti waffe mu buweereza bwe." }, { "english": "Our president is a religious man.", "luganda": "Pulezidenti waffe yettanira nnyo eddiini." }, { "english": "All the mourners were asking how the deceased died.", "luganda": "Abakungubazi bonna baali beebuuza engeri omugenzi gye yafaamu." }, { "english": "The family of the deceased has announced that the mayor will be buried tomorrow.", "luganda": "Ab'omu maka g'omugenzi balangiridde nti meeya ajja kuziikibwa nkya." }, { "english": "She pledged to pay the school fees of her late brother's children.", "luganda": "Yeeyamye okusasulira fiizi abaana ba muganda we eyafa." }, { "english": "The deceased died of a heart attack.", "luganda": "Omugenzi yafudde mutima." }, { "english": "My wife has spent three weeks in this hospital.", "luganda": "Mukyala wange amaze wiiki ssatu mu ddwaliro lino." }, { "english": "Four students in our class have tested positive for coronavirus.", "luganda": "Abayizi bana mu kibiina kyaffe baabasanzeemu ekirwadde kya corona." }, { "english": "That woman died of breathing complications from coronavirus.", "luganda": "Omukazi oyo yafa lwa butasobola kussa bulungi olw'ekirwadde kya corona." }, { "english": "The director of that hospital was put on oxygen because he wasn't breathing properly.", "luganda": "Dayirekita w'eddwaliro eryo baamussa ku kyuma kya oxygen olw'okuba yali tassa bulungi." }, { "english": "My mother died on the way to the hospital.", "luganda": "Maama wange yafiira mu kkubo nga bamutwala mu ddwaliro." }, { "english": "Some people think that coronavirus is just a rumor spread by the government.", "luganda": "Abantu abamu balowooza nti ekirwadde kya corona mboozi buboozi ebunyisibwa gavumenti." }, { "english": "That man's wife has succumbed to coronavirus.", "luganda": "Mukyala w'omusajja oyo yafa ekirwadde kya corona." }, { "english": "The hospital has admitted six new cases of coronavirus.", "luganda": "Eddwaliro lifunye abalwadde abalala mukaaga abalina ekirwadde kya corona." }, { "english": "The residents are not allowed to leave their homes until the lockdown is lifted.", "luganda": "Abantu tebakkirizibwa kuva waka okutuusa ng'omuggalo gugiddwawo." }, { "english": "That man was the first coronavirus case in this country.", "luganda": "Omusajja oyo ye yasooka okukwatibwa obulwadde bwa corona mu ggwanga." }, { "english": "China has been under total lockdown for a year.", "luganda": "China emaze omwaka ng'eri mu muggalo ogw'amaanyi." }, { "english": "There should be a testing center for coronavirus at the airport.", "luganda": "Wasaanidde okuteekebwawo ekifo we bakeberera obulwadde bwa corona ku kisaawe ky'ennyonyi." }, { "english": "There is a high rate of coronavirus infections around marketplaces.", "luganda": "Abantu bangi bakwatibwa obulwadde bwa corona mu bifo awali obutale." }, { "english": "She went to the market to buy foodstuffs for her daughter's birthday party.", "luganda": "Yagenda mu katale okugula eby'okulya eby'omukolo gw'amazaalibwa ga muwala we." }, { "english": "We saw many police officers around the market today.", "luganda": "Twalabye abapoliisi bangi ku katale leero." }, { "english": "My father sells fish in the market.", "luganda": "Taata wange atunda byennyanja mu katale." }, { "english": "The government has built nine new hospitals to handle coronavirus patients.", "luganda": "Gavumenti ezimbye amalwaliro amapya mwenda okukola ku balwadde ba corona." }, { "english": "That school was closed because three students tested positive for coronavirus.", "luganda": "Essomero eryo baaliggala olw'okuba abayizi baalyo basatu baasangibwamu ekirwadde kya corona." }, { "english": "The schools in Uganda have been closed since April because of the pandemic.", "luganda": "Amasomero mu Uganda gabadde maggale okuva mu Apuli olw'ekirwadde." }, { "english": "According to some scientists coronavirus can stick to plastic surfaces for three days.", "luganda": "Okusinziira ku bannassaayansi abamu akawuka ka corona kasobola okusigala ku pulasitiika okumala ennaku ssatu." }, { "english": "Some of the vendors in this market have tested positive for coronavirus.", "luganda": "Abamu ku basuubuzi b'omu katale babazuddemu obulwadde bwa corona." }, { "english": "Two doctors check on that patient every thirty minutes.", "luganda": "Abasawo babiri bakebera ku mulwadde buli luvannyuma lw'eddakiika asatu." }, { "english": "The office premises were disinfected in order to kill the coronavirus.", "luganda": "Ebizimbe bya ofiisi baabifuuyidde eddagala okusobola okutta akawuka ka corona." }, { "english": "The mayor has announced that she will seek re-election next year.", "luganda": "Meeya yalangiridde nti ajja kuddamu yeesimbewo omwaka ogujja." }, { "english": "My mother is sixty seven years old.", "luganda": "Maama wange alina emyaka nkaaga mu musanvu." }, { "english": "She studied from abroad.", "luganda": "Yasomera mu nsi za bweru." }, { "english": "The international sports competitions were canceled because of the pandemic.", "luganda": "Empaka z'eby'emizannyo ez'ensi yonna zaasazibwamu olw'ekirwadde." }, { "english": "This is the first swimming competition in this country from the time the lockdown was lifted.", "luganda": "Guno gwe mulundi ogusoose okuba n'empaka z'okuwugga bukya omuggalo guggibwawo." }, { "english": "Our parents warned our sister against postponing her wedding twice.", "luganda": "Bazadde baffe baalabula muganda waffe olw'okwongezaayo embaga ye emirundi ebiri." }, { "english": "The government has encouraged its citizens to observe the standard operating procedures.", "luganda": "Gavumenti ekubirizza abantu okugoberera ebiragiro ebyassibwawo okutangira ekirwadde." }, { "english": "The president of the football council has promised that the matches will run smoothly.", "luganda": "Pulezidenti w'ekibiina ekiddukanya omupiira yasuubizza nti emipiira gijja kutambula bulungi." }, { "english": "That woman sells her rice at a cheap price.", "luganda": "Omukazi oyo taseera muceere gwe." }, { "english": "The advancement in the health care system has facilitated the provision of more effective medical solutions.", "luganda": "Enkulaakulana mu by'obujjanjabi esobozesezza okufuna eddagala eritali limu." }, { "english": "Some countries didn't implement the lockdown measure as a mitigation to the pandemic.", "luganda": "Amawanga agamu tegassaawo muggalo okusobola okutangira ekirwadde." }, { "english": "The government believes that the lockdown has helped in reducing the spread of coronavirus.", "luganda": "Gavumenti ekkiriza nti omuggalo guyambye mu kukendeeza ku sipiidi ekirwadde kwe kisaasaanira." }, { "english": "The netball match that was scheduled for tomorrow has been postponed because of the pandemic.", "luganda": "Omuzannyo gw'okubaka ogubadde ogw'okubaawo enkya gwongezeddwayo olw'ekirwadde." }, { "english": "She encourages her children to take their studies seriously.", "luganda": "Yakubirizza abaana be okufaayo ennyo ku misomo gyabwe." }, { "english": "The doctor said that he could not tell if I have coronavirus without testing me.", "luganda": "Omusawo yagambye nti tasobola kumanya obanga nnina obulwadde bwa corona nga tasoose kunkebera." }, { "english": "She reduced the price of her eggs so that she could get more customers.", "luganda": "Yakendeezezza ku bbeeyi y'amagi ge asobole okufuna bakasitoma bangi." }, { "english": "The nurse took a sample of my blood to the laboratory to test for malaria.", "luganda": "Omusawo yanziggyeeko omusaayi n'agutwala okugukebera alabe obanga nnina omusujja gw'ensiri." }, { "english": "Doctors have advised us to social distance to protect ourselves against coronavirus.", "luganda": "Abasawo batukubirizza okwewa amabanga tusobole okwewala okukwatibwa ekirwadde kya corona." }, { "english": "The directors will have a meeting tomorrow to determine if the company is performing as expected.", "luganda": "Badayirekita bajja kuba n'olukungaana enkya balabe obanga kampuni ekola bulungi nga bw'esuubirwa." }, { "english": "That man is the best swimmer in the world.", "luganda": "Omusajja oyo y'asinga okuwuga mu nsi." }, { "english": "More people have succumbed to coronavirus during the second wave than in the first wave.", "luganda": "Abantu bangi bafudde obulwadde bwa corona ku mulundi ogw'okubiri okusinga bwe kyali ku mulundi ogwasooka." }, { "english": "The wedding was postponed because the groom was involved in a car accident.", "luganda": "Embaga yayongezeddwayo olw'okuba omugole omusajja yagudde ku kabenje." }, { "english": "That organization hasn't decided whether they will continue to sponsor our rugby team or not.", "luganda": "Ekibiina ekyo tekinnasalawo obanga kineeyongera okuvujjirira ttiimi yaffe eya lagibe." }, { "english": "That district has organized a fundraising ceremony to raise money for a new bridge.", "luganda": "Disitulikiti eyo etegese omukolo ogw'okusonda ssente ez'okuwa omugole omukazi." }, { "english": "The new governor will serve in his office for the next four years.", "luganda": "Gavana omuggya ajja kuweereza mu ofiisi ye okumala emyaka ena." }, { "english": "Everybody expects my sister to be the next prime minister of this country.", "luganda": "Buli omu asuubira nti mwannyinaze y'agenda okufuuka ssaabaminisita w'eggwanga addako." }, { "english": "Most women do not express themselves freely because they are scared that society will judge them.", "luganda": "Abakazi abasinga tebawa ndowooza yaabwe olw'okutya abalala kye bayinza okubalowooleza." }, { "english": "That scientist has done thorough research about the coronavirus.", "luganda": "Munnassaayansi oyo anoonyerezza nnyo ku kawuka ka corona." }, { "english": "There are eight candidates in the presidential race.", "luganda": "Abantu munaana be beesimbyewo okuvuganya ku bwa pulezidenti." }, { "english": "Our district chairperson has declared that this will be his last term in office.", "luganda": "Ssentebe wa disitulikiti yaffe alangiridde nti kino kye kisanja kye ekisembyeyo." }, { "english": "We are happy to receive the news about our daughter's engagement.", "luganda": "Tusanyuse nnyo okufuna amawulire agakwata ku muwala waffe okuba nti agenda kufumbirwa." }, { "english": "The board of directors secretly voted my father out of his company.", "luganda": "Akakiiko ka badayirekita kaasazeewo mu nkukutu okuggya taata wange mu kampuni." }, { "english": "We hardly see our father nowadays because he is busy with his campaigns.", "luganda": "Tulwawo okulaba taata kubanga kati anoonya kalulu." }, { "english": "Those two organizations held a conference to discuss how they can work together.", "luganda": "Ebibiina ebibiri byafunye olukungaana okulaba engeri gye biyinza okukolera awamu." }, { "english": "Many people have been struggling to service their bank loans during this pandemic.", "luganda": "Mu kiseera ky'ekirwadde kino abantu bangi bakisanze nga kizibu okusasula amabanja ge balina mu bbanka." }, { "english": "Some financial institutions charge unreasonably high interest rates on loans.", "luganda": "Ebibiina ebimu ebiwozi bya ssente bisaba amagoba mangi nnyo." }, { "english": "Tourism has contributed to the growth of Uganda's revenue.", "luganda": "Eby'obulambuzi bikoze kinene nnyo mu kwongeza obungi bwa ssente Uganda z'efuna mu misolo." }, { "english": "My brother took a year off school to travel around the world.", "luganda": "Muganda wange yamala omwaka mulamba nga tasoma ng'atalaaga ensi." }, { "english": "My mother reduced my pocket money because I failed the midterm examinations.", "luganda": "Maama wange yakendeeza ku ssente z'ampa olw'okuba nnagwa ebigezo by'omu makkati ga ttaamu." }, { "english": "The insurance company paid for my father's hospital bills.", "luganda": "Kampuni ya yinsuwa yasasulira taata ebisale by'eddwaliro." }, { "english": "She is saving money to start her own business in the future.", "luganda": "Atereka ssente asobole okwetandikirawo bizineesi mu biseera eby'omu maaso." }, { "english": "Doctors around the country have teamed up to strike for higher pay.", "luganda": "Abasawo mu ggwanga beekobaanye okwekalakaasa babongeze omusaala." }, { "english": "She is ninety days overdue on her bank loan.", "luganda": "Ebbanja lye ery'omu bbanka kati liyiseeko ennaku kyenda." }, { "english": "Businesses must do research about their customers' needs to be successful.", "luganda": "Abasuubuzi basaanidde okunoonyereza ku byetaago bya bakasitoma baabwe kibayambe okutuuka ku buwanguzi." }, { "english": "Some of the employees have agreed to work together on the new project.", "luganda": "Abamu ku bakozi bakkirizza okukolera awamu ku projekiti empya." }, { "english": "There are many oil reserves in Western Uganda.", "luganda": "Waliwo enzizi z'amafuta nnyingi mu Bugwanjuba bwa Uganda." }, { "english": "This company produces petroleum jelly for all skin types.", "luganda": "Kampuni eno ekola ebizigo ebya buli kika ky'olususu." }, { "english": "She got a loan from the bank to pay her children's school fees.", "luganda": "Yeewola ssente mu bbanka okusobola okusasulira abaana be ebisale by'essomero." }, { "english": "Customers are charged transaction fees when withdrawing money from their accounts.", "luganda": "Bakasitoma babasasuza ssente z'empeereza nga baggya ssente ku akawunta zaabwe." }, { "english": "Customers are important stakeholders in every business.", "luganda": "Bakasitoma bakulu nnyo mu buli bizineesi." }, { "english": "My father is a very powerful man in this village.", "luganda": "Taata wange muntu wa maanyi nnyo ku kyalo kino." }, { "english": "My sister got a loan to finance her bakery business.", "luganda": "Muganda wange yeewola ssente mu bbanka asobole okutandikawo bizineesi y'okufumba emigaati." }, { "english": "That bank has branches in over twenty African countries.", "luganda": "Bbanka eyo erina amatabi mu mawanga ga Afirika agasukka mu makumi abiri." }, { "english": "Prices of petroleum-based products have increased because of the increase in the price of crude oil.", "luganda": "Ebbeeyi y'ebintu ebikolebwa mu mafuta erinnye olw'okuba bbeeyi y'amafuta erinnye." }, { "english": "Exporting crude oil earns the government twenty billion American dollars every year.", "luganda": "Gavumenti efuna obuwumbi bwa ddoola z'Amerika abiri buli mwaka mu kutunda amafuta ebweru w'eggwanga." }, { "english": "The new cement factory will create jobs for many youths in this area.", "luganda": "Kampuni ya sseminti ejja kusobozesa abavubuka bangi mu kitundu kino okufuna emirimu." }, { "english": "The government makes money by exporting crude oil to other countries.", "luganda": "Gavumenti ekola ssente mu kutunza ensi endala amafuta." }, { "english": "She invested in a poultry business to top up on her monthly salary.", "luganda": "Yatandika okulunda enkoko asobole okwongereza ku musaala gwe ogw'omwezi." }, { "english": "The bank has invested in a mobile banking application.", "luganda": "Bbanka etadde ssente mu apu abantu gye basobola okukozesa ku bya bbanka." }, { "english": "The price of fuel keeps going up because manufacturing companies are producing less fuel to gain more profit.", "luganda": "Ebbeeyi y'amafuta yeeyongera okulinnya olw'okuba kampuni z'amafuta zikendeezezza obungi bw'amafuta ge zifulumya zisobole okukola amagoba mangi." }, { "english": "There is high demand for bottled drinking water because of the hot weather.", "luganda": "Abantu beeyongedde okugula amazzi ag'omu bucupa olw'okuba ebbugumu lingi." }, { "english": "My mother mentors women who want to start their own businesses.", "luganda": "Maama wange atendeka abakyala abaagala okutandikawo bizineesi ezaabwe ku bwabwe." }, { "english": "There is a mobile application to help people order for food without having to go to the restaurant.", "luganda": "Waliwo apu y'oku ssimu ne ku kompyuta abantu gye basobola okukozesa okulagiriza emmere nga tekibeetaagisizza kugenda we bagitundira." }, { "english": "Many people are shifting to cheaper houses because of the pandemic.", "luganda": "Abantu bangi basengukira mu mayumba agatali ga bbeeyi olw'ekirwadde." }, { "english": "Transport fares have increased during this pandemic.", "luganda": "Ebisale by'entambula birinnye mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "Our boss asked some of us to work from home so as to observe the standard operating procedures.", "luganda": "Mukama waffe ku mulimu yasaba abamu ku ffe okukolera awaka okusobola okugoberera ebiragiro ebyassibwawo okutangira ekirwadde kya corona." }, { "english": "The company pays a ten thousand Ugandan shillings commission for every new client an employee brings in.", "luganda": "Kampuni ewa akasiimo ka mutwalo gumu eri buli mukozi ku buli kasitoma gw'aleeta." }, { "english": "She got a roommate because she could not afford to pay rent on her own.", "luganda": "Yafunayo gw'abeera naye mu nnyumba olw'okuba yali tasobola kusasula ssente za bupangisa yekka." }, { "english": "We were advised to work from home because one of our colleagues tested positive for coronavirus.", "luganda": "Twasabibwa okukolera awaka olw'okuba omu ku bakozi bannaffe yazuulwamu ekirwadde kya corona." }, { "english": "He opened a new branch for his bakery last year.", "luganda": "Yaggulawo ettabi eddala erya beekeeri ye omwaka oguwedde." }, { "english": "Clients prefer to use mobile banking because it saves time.", "luganda": "Bakasitoma baagala nnyo okukolera ku intaneeti ebintu bya bbanka olw'okuba kitaasa obudde." }, { "english": "Most schools resorted to online classes during the lockdown.", "luganda": "Amasomero agasinga obungi gaatandika okusomeseza ku intaneeti mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "Some banks have implemented fingerprint scanning systems for their clients.", "luganda": "Bbanka ezimu zikozesa enkola ey'okukwata ekinkumu kya bakasitoma." }, { "english": "I have lived with my boyfriend for six months.", "luganda": "Mbadde mbeera ne muganzi wange okumala emyezi mukaaga." }, { "english": "We share our office with two other companies.", "luganda": "Ofiisi yaffe tugigabana ne kampuni endala bbiri." }, { "english": "There is a training for all company employees tomorrow.", "luganda": "Abakozi ba kampuni bonna bagenda kutendekebwa enkya." }, { "english": "My mother went to the bank to withdraw money yesterday.", "luganda": "Maama wange yagenze ku bbanka jjo okuggyayo ssente." }, { "english": "This bank has over two million customers.", "luganda": "Bbanka erina bakasitoma abasukka mu bukadde bubiri." }, { "english": "She changed the name of her company to attract more customers.", "luganda": "Yakyusa erinnya lya kampuni ye asobole okusika bakasitoma bangi." }, { "english": "Our company has received more customers this year because of its good reputation.", "luganda": "Kampuni yaffe efunye bakasitoma bangi omwaka guno olw'erinnya eddungi ly'ekoze." }, { "english": "The bank made a huge profit during the lockdown because many people got loans to support their families.", "luganda": "Bbanka yafuna amagoba mangi mu kiseera ky'omuggalo olw'okuba abantu bangi baafuna looni okulabirira ab'omu maka gaabwe." }, { "english": "She borrowed money from the bank to finance her wedding.", "luganda": "Yeewola ssente mu bbanka okusobola okukola embaga ye." }, { "english": "I did not have money to pay for the sugar so my friend let me take it on credit.", "luganda": "Nnali sirina ssente za kugula ssukaali mukwano gwange n'anzikkiriza okumutwalira ku bbanja ." }, { "english": "My sister teaches mathematics at a nearby school.", "luganda": "Muganda wange asomesa kubala ku ssomero eririraanyeewo." }, { "english": "Sometimes I imagine what my future husband will look like.", "luganda": "Oluusi nneebuuza obanga oyo anaafuuka omwami wange aliba afaanana atya." }, { "english": "The headteacher explained why parents aren't allowed in the school during non-visiting days.", "luganda": "Omukulu w'essomero yannyonnyola ensonga lwaki abazadde tebakkirizibwa ku ssomero mu nnaku endala ezitali za kukyala." }, { "english": "My father slashed the compound to get rid of the mosquitoes that were biting us.", "luganda": "Taata wange yasaaye oluggya okugoba ensiri ezibaddenga zituluma." }, { "english": "Birds have light bones which makes it easy for them to fly.", "luganda": "Amagumba g'ebinyonyi gawewuka era ekyo kikifuula kyangu gye biri okubuuka." }, { "english": "My brother used crutches to walk when his leg was broken.", "luganda": "Muganda wange yakozesanga miggo okutambula okugulu kwe bwe kwamenyeka." }, { "english": "Muslims do not eat pork because it is a sin in their religion.", "luganda": "Abasiraamu tebalya mbizzi olw'okuba kitwalibwa ng'ekibi mu ddiini yaabwe." }, { "english": "Some farmers make use of the sun to dry their crops.", "luganda": "Abalimi abamu ebirime byabwe babikaliza mu kasana." }, { "english": "The youngest Uganda martyr was only fourteen years old.", "luganda": "Omujulizi Munnayuganda eyali asingayo obuto yalina emyaka kkumi n'ena." }, { "english": "Many pilgrims visit this area to honor the Uganda martyrs.", "luganda": "Abalamazi bangi balambula ekifo kino okussa ekitiibwa mu bajulizi ba Uganda." }, { "english": "My sister is worried that her husband might leave her for another woman.", "luganda": "Muganda wange mweraliikirivu nti omwami we ayinza okumulekawo n'agenda n'omukazi omulala." }, { "english": "Most Christians celebrated Martyrs Day from their homes because of the pandemic.", "luganda": "Abakristaayo abasinga obungi emikolo gy'abajulizi baagikwatidde mu maka gaabwe olw'ekirwadde." }, { "english": "She has remained loyal to her husband even if he is disabled.", "luganda": "Anyweredde ku mwami we wadde ng'aliko obulemu." }, { "english": "The locals killed their king because he was oppressing them.", "luganda": "Abantu batta kabaka waabwe olw'okuba yali abanyigiriza." }, { "english": "My son was murdered last year.", "luganda": "Mutabani wange baamutemula mwaka guwedde." }, { "english": "In the old days kings had the power to kill whoever they wanted.", "luganda": "Mu biseera by'edda bakabaka baalina obuyinza okutta omuntu yenna gwe baayagalanga okutta." }, { "english": "That man killed his sister over a plot of land.", "luganda": "Omusajja oyo yatta mwannyina lwa ttaka." }, { "english": "My father reads the newspaper every day.", "luganda": "Taata wange asoma amawulire buli lunaku." }, { "english": "The British funded the locals' rebellion against their king.", "luganda": "Abangereza baawagira abantu okujeemera kabaka waabwe." }, { "english": "She has succeeded her father as the president of the company.", "luganda": "Yadda mu bigere bya taata we nga pulezidenti wa kampuni." }, { "english": "The prison guards helped him to escape because he promised to pay them five million Ugandan shillings each.", "luganda": "Abakuumi b'ekkomera baamuleka okutoloka olw'okuba yabasuubiza okubasasula obukadde butaano buli omu." }, { "english": "He was allowed to return to his country after ten years of exile.", "luganda": "Yakkirizibwa okukomawo mu nsi ye oluvannyuma lw'okumala emyaka kkumi mu buwanganguse." }, { "english": "Some people are protesting against the president's new laws.", "luganda": "Abantu abamu beekalakaasa olw'amateeka amapya pulezidenti ge yassaawo." }, { "english": "The suspect escaped to another country after murdering his brother.", "luganda": "Ateeberezebwa okutta yaddukira mu nsi endala oluvannyuma lw'okutta muganda we." }, { "english": "The kidnappers persuade children into entering their cars by giving them sweets.", "luganda": "Abawamba abaana babasendasenda okuyingira mu mmotoka zaabwe nga bakozesa swiiti." }, { "english": "The king has been captured by the rebels.", "luganda": "Abayeekera baakutte kabaka." }, { "english": "Martyrs day is a public holiday in Uganda to honor the Catholic converts who were killed because of their faith in God.", "luganda": "Olunaku lw'abajulizi lukuzibwa mu Uganda okujjukira abantu abaali baakafuuka Abakatuliki abattibwa olw'okukkiririza mu Katonda." }, { "english": "The king sentenced many of his subjects to death for being Christians.", "luganda": "Kabaka yalagira bangi ku bantu be okuttibwa olw'okufuuka Abakristaayo." }, { "english": "The deceased was thirty four years old.", "luganda": "Omugenzi yabadde alina emyaka asatu mu ena." }, { "english": "My father became a born-again Christian after his accident last year.", "luganda": "Taata wange yafuuka mulokole oluvannyuma lw'okugwa ku kabenje omwaka oguwedde." }, { "english": "The priest led the mourners towards the deceased's grave.", "luganda": "Omubuulizi yakulembeddemu abakungubazi okugenda ku ntaana y'omugenzi." }, { "english": "My mother is a staunch Catholic.", "luganda": "Maama wange Mukatuliki kungwa." }, { "english": "My husband has been quiet since he returned from work.", "luganda": "Omwami wange abadde musirifu bukya yakomyewo okuva ku mulimu." }, { "english": "Musicians go on world tours to promote their songs.", "luganda": "Abayimbi bagenda okulambula amawanga okutumbula ennyimba zaabwe." }, { "english": "He achieved his goal to become a professional football player.", "luganda": "Yatuuka ku kiruubirirwa kye eky'okufuuka omusambi w'omupiira omukugu." }, { "english": "We visited Bethlehem last month.", "luganda": "Twalambula ekibuga Besirekemu omwezi oguwedde." }, { "english": "The locals have to walk long distances in search of clean water.", "luganda": "Abatuuze balina okutambula engendo empanvu okunoonya amazzi amayonjo." }, { "english": "There is a force that pulls objects thrown into the air back to the ground.", "luganda": "Waliwo amaanyi agasika ebintu ebiba bikasukiddwa mu bbanga ne gabizza wansi." }, { "english": "The priest requested the congregation to contribute money for the new church toilets.", "luganda": "Omubuulizi yagambye abagoberezi okuwaayo ssente basobole okuzimba kaabuyonjo empya." }, { "english": "She is very excited about starting her new job tomorrow.", "luganda": "Yeesunze enkya okutandika okukola omulimu gwe yaakafuna." }, { "english": "My daughter was invited to a classmate's birthday party.", "luganda": "Muwala wange baamuyise ku kabaga k'amazaalibwa ga muyizi munne." }, { "english": "The whole family was shocked when my sister got pregnant at sixteen years.", "luganda": "Ab'awaka bonna beewuunya muganda wange bwe yafuna olubuto ku myaka kkumi na mukaaga." }, { "english": "My father complained that it would be expensive for all of us to visit our grandmother.", "luganda": "Taata wange yagamba nti ffenna okugenda okulaba ku jjajja kijja kutwala ssente nnyingi." }, { "english": "He is at risk of contracting malaria if he does not sleep under a mosquito net.", "luganda": "Singa tasula mu katimba aba mu bulabe obw'okukwatibwa omusujja gw'ensiri." }, { "english": "He shot the bird with a stone from his slingshot.", "luganda": "Yakubye ekinyonyi ejjinja ng'akozesa envuumuulo ye." }, { "english": "The pope visited Uganda five years ago.", "luganda": "Paapa yakyala mu Uganda emyaka etaano emabega." }, { "english": "She bathed her son with herbal soap when he had a rash.", "luganda": "Mutabani we bwe yabutuka omubiri yamunaaza akozesa ssabbuuni akolebwa mu butonde." }, { "english": "All my brother's children have three names.", "luganda": "Abaana ba muganda wange bonna balina amannya asatu." }, { "english": "I was attracted to my husband because of his kindness.", "luganda": "Nnasikirizibwa eri omwami wange olw'ekisa kye yalina." }, { "english": "That woman pushed me out of the line.", "luganda": "Omukazi oyo yansindika okuva mu layini." }, { "english": "There was a very inspirational sermon on television this evening.", "luganda": "Olweggulo lwa leero ku ttivi kubaddeko okubuulira okutuuka ku mutima." }, { "english": "That is one of the most famous churches in Uganda.", "luganda": "Eyo y'emu ku kkanisa ezisinga obututumufu mu Uganda." }, { "english": "She took a thirty minute nap because she was tired.", "luganda": "Yeebaseemu eddakiika asatu olw'okuba yabadde mukoowu." }, { "english": "There was a picture of the newly constructed road in the newspapers.", "luganda": "Ekifaananyi ky'oluguudo olupya kyabadde mu mawulire." }, { "english": "There are too many hawkers around the city center.", "luganda": "Abatembeeyi bangi nnyo mu massekkati g'ekibuga." }, { "english": "The president issued a directive that taxis should not operate for three months.", "luganda": "Pulezidenti yalagira nti ttakisi tezirina kukola okumala emyezi esatu." }, { "english": "The government has repaired most of the roads in the city.", "luganda": "Gavumenti edaabirizza enguudo ezisinga obungi mu kibuga." }, { "english": "He showed me a picture of his new girlfriend this morning.", "luganda": "Yandaze ekifaananyi kya muganzi we omupya enkya ya leero." }, { "english": "The city council has planted flowers along the roadside to improve the scenery.", "luganda": "Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga kisimbye ebimuli ku mabbali g'enguudo okwongera okulabisa obulungi ekibuga." }, { "english": "That is my sister in the photograph.", "luganda": "Oyo ali mu kifaananyi muganda wange." }, { "english": "I boarded a bus to the city last week.", "luganda": "Nnalinnya bbaasi okugenda mu kibuga wiiki ewedde." }, { "english": "The journalist took pictures of the vendors when he visited the market.", "luganda": "Munnamawulire yakubye abatembeeyi ebifaananyi bwe yabadde agenze okulambula akatale." }, { "english": "I enjoy photographing different animals.", "luganda": "Nnyumirwa nnyo okukuba ebifaananyi ebisolo ebitali bimu." }, { "english": "My aunt sells maize along the roadside.", "luganda": "Ssenga wange atundira kasooli ku mabbali g'ekkubo." }, { "english": "She is the best wedding photographer in our town.", "luganda": "Ye mukubi w'ebifaananyi by'abagole asingayo mu kabuga kaffe." }, { "english": "Some people refuse to wear face masks because they feel uncomfortable.", "luganda": "Abantu abamu bagaana okwambala obukookolo olw'okuba bawulira nga bubamalako emirembe." }, { "english": "She took pictures of her father during his birthday party.", "luganda": "Yakubye taata we ebifaananyi ku kabaga k'amazaalibwa ge." }, { "english": "She was walking to the supermarket when a car knocked her.", "luganda": "Yabadde atambula ng'agenda ku ssemaduuka emmotoka n'emutomera." }, { "english": "I took a picture of two puppies on my way home.", "luganda": "Nnakubye obubwa obuto bubiri ekifaananyi bwe nnabadde nzirayo eka." }, { "english": "Many people were walking to work during the lockdown because public transport had been suspended.", "luganda": "Abantu bangi baatambulanga okugenda ku mirimu mu kiseera ky'omuggalo olw'okuba entambula eya lukale yali eyimiriziddwa." }, { "english": "She sent a picture of her baby to her parents.", "luganda": "Yaweereza bazadde be ekifaananyi ky'omwana we omuwere." }, { "english": "Wearing a black dress is suitable for a funeral.", "luganda": "Okwambala ekiteeteeyi ekiddugavu kisaana mu kuziika." }, { "english": "My sister's biggest problem is patience.", "luganda": "Ekizibu ekisinga obunene muganda wange ky'alina bwe butagumiikiriza." }, { "english": "He spoils his wife with romantic gifts all the time.", "luganda": "Akola mukyala we ekyejo ng'amuwa obulabo bw'omukwano buli kiseera." }, { "english": "Coronavirus has led to the death of many people all over the world.", "luganda": "Obulwadde bwa corona busse abantu bangi okwetooloola ensi." }, { "english": "She wore a long dress to the church party.", "luganda": "Yayambadde ekiteeteeyi ekiwanvu ng'agenda ku kabaga k'ekkanisa." }, { "english": "I took a shower before going to school.", "luganda": "Nnasoose kunaaba mubiri nga sinnagenda ku ssomero." }, { "english": "My mother felt uncomfortable sitting in the plastic chair.", "luganda": "Okutuula mu katebe ka pulasitiika kyamazeeko maama wange emirembe." }, { "english": "Our family goes to church every Sunday.", "luganda": "Ab'omu maka gaffe bagenda ku kkanisa buli lwa Ssande." }, { "english": "The manager asked for our views on the new company policies.", "luganda": "Maneja yatusabye tuwe endowooza yaffe ku mateeka ga kampuni amapya." }, { "english": "He responded rudely to one of the clients yesterday.", "luganda": "Yazzeemu bubi omu ku bakasitoma jjo." }, { "english": "She sought advice from her husband about the best phones in the market.", "luganda": "Yeebuuzizza ku mwami we amuwe ku magezi ku ssimu ezisingayo obulungi eziri ku katale." }, { "english": "The president reassured us of his contribution to the orphanage at the end of his speech.", "luganda": "Bwe yabadde amaliriza okwogera pulezidenti yasuubizza okubaako ssente z'awa ekifo awakuumirwa bamulekwa." }, { "english": "He has three children outside his marriage.", "luganda": "Alina abaana basatu wabweru w'obufumbo." }, { "english": "God created man on the sixth day.", "luganda": "Katonda yatonda omuntu ku lunaku olw'omukaaga." }, { "english": "My son likes to run around the house naked after his bath.", "luganda": "Mutabani wange anyumirwa okudduka ng'ali bukunya nga yeetooloola ennyumba oluvannyuma lw'okunaaba." }, { "english": "Most Muslims do not have sex during the fasting period.", "luganda": "Abasiraamu abasinga obungi tebeenyigira mu bikolwa bya kwegatta mu kiseera ky'ekisiibo." }, { "english": "He sets an alarm clock to help him wake up in time for work.", "luganda": "Atega akade okumuzuukusa nga bukyali okugenda ku mulimu." }, { "english": "Most people do not work on Sundays.", "luganda": "Abantu abasinga tebakola ku Ssande." }, { "english": "She woke her husband up at five o'clock in the morning because she was in labor.", "luganda": "Yazuukusa mwami we mu tulo ku ssaawa kkumi n'emu ez'oku makya olw'okuba ebisa byali bimuluma." }, { "english": "There are three services in this church every Sunday.", "luganda": "Wabaawo okusaba kwa mirundi esatu buli lwa Ssande mu kkanisa eno." }, { "english": "My mother went swimming yesterday afternoon.", "luganda": "Jjo olweggulo maama wange yagenze okuwuga." }, { "english": "Her husband cheated on her with their housemaid.", "luganda": "Omwami we yakola obwenzi bwe yeegatta n'omukozi w'awaka." }, { "english": "Christians believe in only one God.", "luganda": "Abakristaayo bakkiriza nti waliwo Katonda omu yekka." }, { "english": "My husband spent two days looking for the perfect gift to give me on our wedding anniversary.", "luganda": "Omwami wange yamala ennaku bbiri ng'anoonya ekirabo ekirungi eky'okumpa ku lunaku lwe twafumbiriganirwako." }, { "english": "There are eleven matches left for the international football league to end.", "luganda": "Liigi y'omupiira ey'ensi yonna esigazzaayo emipiira kkumi na gumu ekomekkerezebwe." }, { "english": "My daughter scored fifteen points out of twenty on the English test.", "luganda": "Muwala wange yafunye obubonero kkumi na butaano ku abiri mu kigezo ky'Olungereza." }, { "english": "The last football match of the season will be played on Wednesday.", "luganda": "Omupiira oguggalawo sizoni gujja kuzannyibwa ku Lwokusatu." }, { "english": "Our national team has qualified for the international football competitions.", "luganda": "Ttiimu yaffe ey'eggwanga yayitamu okwenyigira mu mpaka z'omupiira ez'ensi yonna." }, { "english": "The finals for the swimming competitions will be held next week.", "luganda": "Empaka z'okuwuga ez'akamalirizo zijja kubaawo wiiki ejja." }, { "english": "She prepares her children for school every morning.", "luganda": "Buli ku makya ateekateeka abaana be okugenda ku ssomero." }, { "english": "The netball game will start at midday.", "luganda": "Omuzannyo gw'okubaka gujja kutandika ku ssaawa mukaaga ez'emisana." }, { "english": "I believe that our team will win the football match.", "luganda": "Ndowooza ttiimu yaffe ejja kuwangula omupiira." }, { "english": "She talked to her husband about having another child.", "luganda": "Yayogerako n'omwami we ku ky'okuzaalayo omwana omulala." }, { "english": "My sister sneaked out of the house to meet her boyfriend without our parents' knowledge.", "luganda": "Muganda wange yebbye n'afuluma ennyumba asobole okulaba muganzi we nga bazadde baffe tebamanyi." }, { "english": "There were no supporters to cheer for our team during the netball game.", "luganda": "Ttiimu yaffe ey'okubaka teyabadde na bawagizi." }, { "english": "Most people have adjusted to wearing facemasks to protect themselves against coronavirus.", "luganda": "Abantu abasinga bamanyidde okwambala obukookolo basobole okwewala okukwatibwa obulwadde bwa corona." }, { "english": "A new family just moved into the house next to ours.", "luganda": "Abantu abapya baasengukidde mu nnyumba eriraanye eyaffe." }, { "english": "Her job is to clean all the tables in the restaurant.", "luganda": "Omulimu gwe gwa kulongoosa emmeeza zonna ez'omu kirabo ky'emmere." }, { "english": "Today's football match will be played in the national stadium.", "luganda": "Omupiira gwa leero gujja kuzannyibwa mu kisaawe ky'eggwanga." }, { "english": "This stadium accommodates only six thousand people.", "luganda": "Ekisaawe kino kigyaamu abantu kakaaga bokka." }, { "english": "Fans are not allowed in the stadium because of the pandemic.", "luganda": "Abawagizi tebakkirizibwa mu kisaawe olw'ekirwadde." }, { "english": "The restaurant manager allowed us to carry the leftover food to our homes.", "luganda": "Maneja w'ekirabo ky'emmere yatukkirizza okwetikka emmere okugitwala awaka." }, { "english": "I started playing football ten years ago.", "luganda": "Nnatandika okuzannya omupiira emyaka kkumi emabega." }, { "english": "She said that she missed work yesterday because her dog died.", "luganda": "Agambye nti jjo teyakoze olw'okuba embwa ye yafudde." }, { "english": "My brother will be part of the team during today's basketball game.", "luganda": "Muganda wange ajja kuba omu ku bazannyi mu muzannyo gw'ensero ogugenda okubaayo leero." }, { "english": "One of the players twisted his ankle during training.", "luganda": "Omu ku bazannyi yeekosezza akakongovule mu kwegezaamu." }, { "english": "She is a very famous musician in our country.", "luganda": "Muyimbi mututumufu mu ggwanga." }, { "english": "Those children lost both their parents to coronavirus.", "luganda": "Abaana abo ekirwadde kya corona kyatta bazadde baabwe bombi." }, { "english": "My mother will need at least six weeks to recover from the operation.", "luganda": "Maama wange kijja kumutwalira ekitono ennyo wiiki mukaaga okutereera oluvannyuma lw'okulongoosebwa." }, { "english": "I made a list of all the items I need to buy from the market.", "luganda": "Nnakola olukalala lw'ebintu byonna bye nnali nneetaaga okugula mu katale." }, { "english": "My sister started singing when she was only four years old.", "luganda": "Muganda wange yatandika okuyimba nga wa myaka ena gyokka." }, { "english": "He was born in Cameroon.", "luganda": "Yazaalibwa mu nsi ya Cameroon." }, { "english": "The children performed a play about Jesus' life on earth.", "luganda": "Abaana baazannye omuzannyo ogukwata ku bulamu bwa Yesu ku nsi." }, { "english": "Several musicians held a concert in honor of their fallen colleague.", "luganda": "Abayimbi abatali bamu baakoze ekivvulu okujjukira obulamu bwa muyimbi munnaabwe eyafa." }, { "english": "Their father passed away two weeks after their mother's funeral.", "luganda": "Taata waabwe yafa nga waakayita wiiki bbiri oluvannyuma lw'okuziika maama waabwe." }, { "english": "We were all shocked to learn of the death of our landlord.", "luganda": "Ffenna twakubiddwa enkyukwe okuwulira ku kufa kwa landiroodi waffe." }, { "english": "My grandfather died when he was eighty eight years old.", "luganda": "Jjajja wange yafa nga wa myaka kinaana mu munaana." }, { "english": "Our science teacher died in a car accident while he was on his way to school.", "luganda": "Omusomesa waffe owa ssaayansi yafiiridde mu kabenje k'emmotoka bwe yabadde ajja ku ssomero." }, { "english": "He wrote a song about his childhood.", "luganda": "Yawandiika oluyimba olukwata ku myaka gye egy'obuto." }, { "english": "Many people turned up for the music concert last weekend.", "luganda": "Abantu bangi bazze mu kivvulu ky'ennyimba wiikendi ewedde." }, { "english": "My husband played his guitar on our first date.", "luganda": "Omwami wange yakuba ggita ye ku lunaku lwe twasooka okwogerezeganya." }, { "english": "This restaurant is famous for serving the best chicken in the city.", "luganda": "Ekirabo ky'emmere kino kimanyiddwa olw'okugabula enkoko esinga okuwooma mu kibuga." }, { "english": "He plays two musical instruments.", "luganda": "Akuba ebivuga bya mirundi ebiri." }, { "english": "She played the piano on several occasions.", "luganda": "Yakuba piyano enfunda nnyingi." }, { "english": "The president praised the deceased for his dedication to serving this country.", "luganda": "Pulezidenti yatenderezza omugenzi olw'obumalirivu bwe yalina mu kuweereza eggwanga lino." }, { "english": "My grandfather was one of the first musicians in Uganda.", "luganda": "Jjajja wange omusajja y'omu ku bayimbi abaasooka mu Uganda." }, { "english": "The deceased was passionate about African music.", "luganda": "Omugenzi yali ayagala nnyo ennyimba za Afirika." }, { "english": "The whole country is mourning the loss of one of the greatest musicians.", "luganda": "Eggwanga lyonna likungubaga olw'okufiirwa omu ku bayimbi abasingayo mu byafaayo." }, { "english": "She plays loud music in her car.", "luganda": "Atumbula ennyimba mu mmotoka ye." }, { "english": "My father inspired me to become a surgeon.", "luganda": "Taata wange yankubiriza okuba omusawo alongoosa." }, { "english": "This is one of the best poems that has ever been written.", "luganda": "Kino kye kimu ku bitontome ebyali biwandiikiddwa ebikyasinzeeyo okunyuma." }, { "english": "She filed a lawsuit against the school for expelling her daughter.", "luganda": "Yakubye essomero mu mbuga z'amateeka olw'okugoba muwala we." }, { "english": "She was diagnosed with throat cancer five years ago.", "luganda": "Yazuulwamu kkookolo w'omu bulago emyaka etaano emabega." }, { "english": "He is a musician from Congo.", "luganda": "Omuyimbi oyo ava Congo." }, { "english": "His wife is the lead singer in the church choir.", "luganda": "Mukyala we y'akulemberamu abayimbi mu kkanisa." }, { "english": "My son is a good dancer.", "luganda": "Mutabani wange muzinyi mulungi." }, { "english": "That man was a famous comedian back in the day.", "luganda": "Omusajja oyo yali kazannyirizi mututumufu mu biseera by'edda." }, { "english": "My uncle was sixty six years old when he died.", "luganda": "Kojja wange yafa nga wa myaka nkaaga mu mukaaga." }, { "english": "The deceased's family has confirmed that he succumbed to coronavirus.", "luganda": "Ab'enganda z'omugenzi bakakasizza nti yafudde kirwadde kya corona." }, { "english": "My father is one of the founders of this company.", "luganda": "Taata wange y'omu ku abo abaatandikawo kampuni eno." }, { "english": "The deceased was praised for fighting for the rights of the oppressed people in his community.", "luganda": "Omugenzi baamutenderezza olw'okurwanirira eddembe ly'abantu abanyigirizibwa mu kitundu kye." }, { "english": "I inherited my grandfather's guitar when he died.", "luganda": "Jjajja wange bwe yafa nnasikira ggita ye." }, { "english": "The district chairperson is admired by many people for his honesty.", "luganda": "Abantu bangi baagala nnyo ssentebe wa disitulikiti olw'okuba mwesigwa." }, { "english": "The deceased had two daughters and one son.", "luganda": "Omugenzi yalina abawala babiri n'omulenzi omu." }, { "english": "He married his wife twenty six years ago.", "luganda": "Yawasa mukazi we emyaka abiri mu mukaaga emabega." }, { "english": "He is one of the trainees at our company.", "luganda": "Y'omu ku batendesi mu kampuni yaffe." }, { "english": "My brother plays the trumpet.", "luganda": "Muganda wange afuuwa ekondeere." }, { "english": "Your father was a very talented musician.", "luganda": "Taata wo yali muyimbi nnakinku." }, { "english": "He won the school singing competitions last year.", "luganda": "Yawangula empaka z'okuyimba ku ssomero omwaka oguwedde." }, { "english": "My friend grew up in an orphanage.", "luganda": "Mukwano gwange yakulira mu maka omukuumirwa bamulekwa." }, { "english": "The family members of the deceased were advised to wear gloves when cleaning his body.", "luganda": "Ab'enganda z'omugenzi baagambibwa okwambala ggiraavu nga balongoosa omulambo gwe." }, { "english": "The deceased had been suffering from pneumonia since he was a child.", "luganda": "Omugenzi abadde atawaanyizibwa obulwadde bwa nimooniya okuva mu buto." }, { "english": "Our firstborn is forty seven years old.", "luganda": "Mukulu waffe alina emyaka ana mu musanvu." }, { "english": "The late mayor will be buried tomorrow.", "luganda": "Meeya eyafudde wa kuziikibwa nkya." }, { "english": "The children looked very sad at their father's funeral.", "luganda": "Abaana baabadde banakuwavu nnyo mu kuziika kitaabwe." }, { "english": "The deceased was born in America thirty years ago.", "luganda": "Omugenzi baamuzaalira mu Amerika emyaka asatu emabega." }, { "english": "My sister released her first song yesterday.", "luganda": "Muganda wange yafulumizza oluyimba lwe olwasoose jjo." }, { "english": "There are sixteen songs on his new album.", "luganda": "Alubaamu ye empya erimu ennyimba kkumi na mukaaga." }, { "english": "The company awarded the best performing employees with Christmas bonuses.", "luganda": "Kampuni yawadde akasiimo ka Ssekkukulu eri abakozi abasinze okukola obulungi." }, { "english": "We named our son after the doctor who saved my life.", "luganda": "Mutabani waffe twamutuuma linnya lya musawo eyataasa obulamu bwe." }, { "english": "The deceased did not have any children.", "luganda": "Omugenzi teyazaala mwana yenna." }, { "english": "Our grandmother succumbed to coronavirus three months ago.", "luganda": "Jjajja waffe omukazi yafa obulwadde bwa corona emyezi esatu emabega." }, { "english": "The rock hit his head and he passed on instantly.", "luganda": "Olwazi lwakuba omutwe gwe n'afiirawo." }, { "english": "She runs her salon with two assistants.", "luganda": "Alina abantu babiri abamuyambako mu saluuni ye." }, { "english": "My husband has been in the music industry for eleven years.", "luganda": "Omwami wange okuyimba akumazeemu emyaka kkumi na gumu." }, { "english": "I enjoy listening to his songs because they inspire me to follow my dreams.", "luganda": "Nnyumirwa nnyo ennyimba ze kubanga zinzizaamu amaanyi okukolerera ebirooto byange." }, { "english": "My father resigned from his job last week.", "luganda": "Taata wange yalekulira omulimu gwe yali akola wiiki ewedde." }, { "english": "My sister converted to Islam after marriage.", "luganda": "Muganda wange yafuuka Musiraamu oluvannyuma lw'okufumbirwa." }, { "english": "His father is a police officer.", "luganda": "Taata we mupoliisi." }, { "english": "Our neighbor died due to breathing complications.", "luganda": "Muliraanwa waffe yafa nga tassa bulungi." }, { "english": "His songs have inspirational messages for young people.", "luganda": "Ennyimba ze zizzaamu nnyo abavubuka amaanyi." }, { "english": "My father died during heart surgery.", "luganda": "Taata wange yafa bamulongoosa mutima." }, { "english": "She was born in a very poor family.", "luganda": "Yazaalibwa mu maka maavu nnyo." }, { "english": "He sang a song about how the government is oppressing its citizens.", "luganda": "Yayimba oluyimba ku ngeri gavumenti gy'enyigirizaamu abantu baayo." }, { "english": "Four people died in a car accident this morning.", "luganda": "Abantu bana baafiiridde mu kabenje k'emmotoka enkya ya leero." }, { "english": "I still listen to my brother's music even though he passed on.", "luganda": "Nkyawuliriza ennyimba za muganda wange wadde nga yafa." }, { "english": "We visited the ancient city located in Turkey last Christmas.", "luganda": "Ku Ssekkukulu eyaggwa twalambula ekibuga eky'edda ekisangibwa mu Turkey." }, { "english": "He was an American gospel singer.", "luganda": "Yali Mumerika ayimba ennyimba z'eddiini." }, { "english": "She contracted coronavirus during her performance at our wedding.", "luganda": "Obulwadde bwa corona yabufuna ayimba ku mukolo gwaffe ogw'embaga." }, { "english": "The pastor led the congregation in a song of worship during his sermon.", "luganda": "Omubuulizi yakulemberamu abagoberezi mu kuyimba bwe yali abuulira." }, { "english": "My sister loves listening to gospel music because it calms her down.", "luganda": "Muganda wange anyumirwa nnyo okuwuliriza ennyimba z'eddiini kubanga zimuwummuza ebirowoozo." }, { "english": "Uganda lost thirty seven health workers to coronavirus in July.", "luganda": "Mu mwezi gwa Jjulaayi abasawo mu Uganda abaafa ekirwadde kya corona baali asatu mu musanvu." }, { "english": "This organization supports orphans and widows.", "luganda": "Ekibiina kino kiyamba bannamwandu ne bamulekwa." }, { "english": "There were many famous people at the wedding ceremony I attended yesterday.", "luganda": "Ku mbaga gye nnabaddeko jjo kwabaddeko abantu bangi abamanyifu." }, { "english": "Some people from foreign countries have never seen barkcloth in their lives.", "luganda": "Abantu abamu abava mu mawanga amalala tebalabangako mbugo mu bulamu bwabwe." }, { "english": "The audience was amazed by the designs at the fashion show last night.", "luganda": "Abalabi beewuunyizza nnyo emisono gy'engoye egyayoleseddwa eggulo." }, { "english": "The winner of the fashion competition received one hundred million Ugandan shillings.", "luganda": "Eyawangudde empaka z'omwoleso yafunye obukadde kikumi obwa ssente za Uganda." }, { "english": "My friend's mother is Nigerian.", "luganda": "Maama wa mukwano gwange Munnayigeriya." }, { "english": "She hosts a children's show on television every Saturday afternoon.", "luganda": "Akubiriza programu y'abaana buli Lwamukaaga olweggulo." }, { "english": "He is one of the most inspiring upcoming artists.", "luganda": "Y'omu ku bayimbi ab'ekitone abajja." }, { "english": "Our daughter does not eat meat.", "luganda": "Muwala waffe talya nnyama." }, { "english": "My sister was having a hard time washing all the clothes on her own.", "luganda": "Muganda wange yakaluubirirwa okwoza engoye zonna yekka." }, { "english": "This fabric is meant for sports uniforms.", "luganda": "Matiriyo eno nnungi kutungamu yunifoomu za bya mizannyo." }, { "english": "The deceased was buried in her favorite gomesi.", "luganda": "Omugenzi baamuziise mu ggomesi ye gye yali asinga okwagala." }, { "english": "My mother looked at me suspiciously when she found me in the kitchen.", "luganda": "Maama wange yantunuulidde anneekengera bwe yansanze mu ffumbiro." }, { "english": "My bedsheets were made from cotton.", "luganda": "Amasuuka gange baagakola mu pamba." }, { "english": "She was the first woman to wear trousers in this office.", "luganda": "Ye mukazi eyasooka okwambala empale mu ofiisi eno." }, { "english": "I am wearing a jacket because it might rain later in the day.", "luganda": "Nyambadde kooti olw'okuba gye bujja enkuba eyinza okutonnya." }, { "english": "My brother wore an expensive black leather jacket today.", "luganda": "Leero muganda wange yayambadde jaketi ey'eddiba ey'ebbeeyi." }, { "english": "Barkcloth is one of the oldest fabrics in the world.", "luganda": "Embugo ze zimu ku bintu ebikolebwamu engoye ebisingayo obukadde mu nsi." }, { "english": "We cannot confirm when our daughter stopped wearing diapers.", "luganda": "Tetusobola kukubuulira ddala ddi muwala waffe lwe yasemba okwambala nnappi." }, { "english": "The king wore white barkcloth during his coronation ceremony.", "luganda": "Kabaka yayambadde embugo enjeru ku mukolo gw'amattikira ge." }, { "english": "The king has encouraged every household to plant at least one tree in their compound.", "luganda": "Kabaka akubirizza buli maka okusimbayo waakiri omuti gumu mu luggya lwabwe." }, { "english": "This school has taught our children how to sew their clothes.", "luganda": "Essomero lino liyigirizza abaana baffe engeri y'okutungamu engoye zaabwe." }, { "english": "This organization aims to promote world peace through international cooperation in culture.", "luganda": "Ekibiina kino kirina ekiruubirirwa eky'okutumbula emirembe gy'ensi yonna okuyitira mu nkolagana y'abantu abava mu mawanga ag'enjawulo." }, { "english": "The deceased's body has to be preserved until his children arrive from abroad.", "luganda": "Omulambo gw'omugenzi balina okugukuuma okutuusa abaana be lwe banaatuuka okuva mu nsi z'ebweru." }, { "english": "The late chief was buried in two hundred pieces of barkcloth.", "luganda": "Omwami w'ekyalo eyafa yaziikibwa mu mbugo ebikumi bibiri." }, { "english": "The doctor gave me a cream for my skin rash.", "luganda": "Omusawo yampa ekizigo eky'okusiiga ku lususu lwange olwali lubutuse." }, { "english": "She uses her computer to do her work as well as watch movies.", "luganda": "Akozesa kompyuta ye okukola emirimu gye n'okulabirako firimu." }, { "english": "It was prohibited for women to wear trousers in the old days.", "luganda": "Edda abakazi baali tebakkirizibwa kwambala mpale." }, { "english": "The company pays over ten million Ugandan shillings in taxes every year.", "luganda": "Kampuni esasula omusolo ogusukka mu bukadde kkumi obwa ssente za Uganda buli mwaka." }, { "english": "Her parents gifted her with a brand new car on her graduation day.", "luganda": "Bazadde be baamuwadde ekirabo kya mmotoka mpya ku matikkira ge." }, { "english": "My father became famous when he opened up an orphanage in the village.", "luganda": "Taata wange yayatiikirira nnyo bwe yaggulawo ekifo awalabirirwa bamulekwa." }, { "english": "It is rare to find people wearing barkcloth nowadays.", "luganda": "Ennaku zino si kya bulijjo kusanga bantu bambadde mbugo." }, { "english": "Most foreigners despise our traditional wear because it doesn't suit them.", "luganda": "Abantu bangi ab'ebweru banyooma engoye zaffe ez'obuwangwa olw'okuba tezibakolera." }, { "english": "Cotton is one of Uganda's major cash crops that is used to make clothes.", "luganda": "Ppamba kye kimu ku birime ebikolebwamu engoye Uganda by'esinga okufunamu ssente." }, { "english": "The missionaries believed that the barkcloth was worn by witches.", "luganda": "Abaminsani baalowoozanga nti embugo zaayambalibwanga basamize." }, { "english": "The locals cut down trees to burn charcoal.", "luganda": "Abantu batema emiti okukolamu amanda." }, { "english": "The second world war was caused by the failure of peace efforts between Germany and France.", "luganda": "Ssematalo eyasooka yava ku nteeseganya ez'emirembe wakati wa Bugirimaani ne Bufalansa okugwa obutaka." }, { "english": "Uganda got its independence from the British fifty eight years ago.", "luganda": "Uganda yafuna obwetwaze okuva ku Bungereza emyaka ataano mu munaana emabega." }, { "english": "The tailor designed a beautiful dress for me.", "luganda": "Omutunzi yantungidde olugoye olulungi." }, { "english": "My father sells goat meat in the market.", "luganda": "Taata wange atunda nnyama ya mbuzi mu katale." }, { "english": "She harvested all the ripe mangoes from the tree.", "luganda": "Yakungudde emiyembe gyonna egyabadde gyengedde ku muti." }, { "english": "The farmers are harvesting beans from their gardens.", "luganda": "Abalimi bakungula bijanjaalo okuva mu nnimiro zaabwe." }, { "english": "The low maize production was caused by the long drought.", "luganda": "Kasooli obutayala kyava ku kyeya ekiwanvu." }, { "english": "My boyfriend hid the engagement ring inside my birthday cake.", "luganda": "Muganzi wange empeta ey'okunteekako ng'akalambe yagikweka mu keeki y'amazaalibwa gange." }, { "english": "We harvested ten bags of maize from our farm last season.", "luganda": "Sizoni ewedde twakungula ensawo za kasooli kkumi okuva mu nnimiro yaffe." }, { "english": "She removed her sweater because she was feeling hot.", "luganda": "Yaggyeemu esweta olw'okuba yabadde awulira ebbugumu." }, { "english": "My mother covered the food before putting it on the stove to cook.", "luganda": "Maama wange yabisse ku mmere nga tannagiteeka ku sigiri kugifumba." }, { "english": "This tree has existed for over fifty years.", "luganda": "Omuti guno gubaddewo okumala emyaka egisukka mu ataano." }, { "english": "Rice takes about thirty minutes to cook properly.", "luganda": "Omuceere gutwala eddakiika ng'asatu okuggya obulungi." }, { "english": "She hit the coconut with a stone to open it.", "luganda": "Ekinazi yakyasizza ng'akozesa ejjinja." }, { "english": "She hangs her clothes on the line to dry.", "luganda": "Yayanise engoye ze ku waya okukala." }, { "english": "Barkcloth was common in Central Uganda.", "luganda": "Embugo zaabanga nnyingi mu bitundu by'omu massekkati ga Uganda." }, { "english": "The models wore skirts made out of barkcloth.", "luganda": "Engoye ez'okwolesa zaali sikaati ezikoleddwa mu mbugo." }, { "english": "My wife designs beautiful wedding gowns.", "luganda": "Mukyala wange atunga gawuni z'abagole ezirabika obulungi." }, { "english": "We attended a fashion show over the weekend.", "luganda": "Twagenze mu mwoleso gw'engoye ku wiikendi." }, { "english": "Your mother bought a green dress from my shop yesterday.", "luganda": "Maama wo yaguze ekiteeteeyi ekya kiragala mu dduuka lyange jjo." }, { "english": "That boutique sells ladies' clothes.", "luganda": "Edduuka ly'engoye eryo litunda ngoye za bakazi." }, { "english": "The jacket was designed with leather patches on the elbows.", "luganda": "Kooti baagikola nga ku bukokola bataddeko maliba." }, { "english": "Barkcloth is an ancient craft of the people in central Uganda.", "luganda": "Embugo zaakolebwanga edda abantu abaali babeera mu massekkati ga Uganda." }, { "english": "Some clothes are made from cotton nylon and silk fabrics.", "luganda": "Engoye ezimu bazikola mu ppamba mu nnayirooni ne mu siriki." }, { "english": "He is fond of wearing buggy outfits.", "luganda": "Atera okwambala engoye ennene." }, { "english": "It is very difficult to find people wearing barkcloth these days.", "luganda": "Ennaku zino kizibu nnyo okusanga abantu nga bambadde embugo." }, { "english": "She always wears trendy fashions.", "luganda": "Atera okwambala engoye eziri ku mulembe." }, { "english": "What is barkcloth used for?", "luganda": "Embugo zikozesebwa mu ki?" }, { "english": "Some of the clothes on the Ugandan market are imported from other countries.", "luganda": "Ezimu ku ngoye eziri ku katale ka Ugandan ziggibwa mu nsi za bweru." }, { "english": "What is the local name for barkcloth?", "luganda": "Embugo ziyitibwa linnya ki wano?" }, { "english": "The prices of products usually go high due to an increase in taxes.", "luganda": "Ebbeeyi y'ebintu etera okulinnya ng'emisolo girinnye." }, { "english": "Barkcloth is more expensive than leather.", "luganda": "Olubugo baluseera okusinga eddiba." }, { "english": "She lives a luxurious life.", "luganda": "Abeera mu bulamu obw'okwejalabya." }, { "english": "Barkcloth is brown in color.", "luganda": "Embugo ziba za langi ya kitaka." }, { "english": "Her skin complexion is different from that of her siblings.", "luganda": "Olususu lwe lwawukana ku lwa baganda be." }, { "english": "How long do trees take to grow?", "luganda": "Emiti gitwala bbanga ki okukula?" }, { "english": "She had the most unique outfit at the party.", "luganda": "Olugoye lwe lwabadde lwa njawulo nnyo ku z'abalala abaabadde ku kabaga." }, { "english": "He lived a luxurious life.", "luganda": "Yali mu bulamu obw'okwejalabya." }, { "english": "He is my favorite musician.", "luganda": "Ye muyimbi gwe nsinga okwagala." }, { "english": "Music concerts were closed as a result of the pandemic.", "luganda": "Ebivvulu by'ennyimba byaggalwawo olw'ekirwadde." }, { "english": "That musician has very many fans.", "luganda": "Omuyimbi oyo alina abawagizi bangi." }, { "english": "After winning the elections he came back and thanked the villagers for voting for him.", "luganda": "Bwe yamala okuwangula akalulu yakomawo ne yeebaza abantu ku kyalo olw'okumulonda." }, { "english": "We believe that prayer can change things.", "luganda": "Tukkiriza nti okusaba kusobola okukyusa ebintu." }, { "english": "The decoration was not impressive.", "luganda": "Bye baatimbye tebyanyumye nnyo." }, { "english": "Dancehall songs are the most played in nightclubs.", "luganda": "Ennyimba ez'ebiggunda ze zisinga okukubibwa mu kiraabu ekiro." }, { "english": "Ladies' handbags are expensive.", "luganda": "Ensawo z'abakyala baziseera." }, { "english": "Female artists should try to dress more appropriately.", "luganda": "Abayimbi abakazi basaanidde okufuba okwambala obulungi." }, { "english": "Her entire family was very joyful when she won the competitions.", "luganda": "Ab'enganda ze baasanyuse nnyo bwe yawangudde empaka." }, { "english": "My brother is a songwriter even though he cannot sing.", "luganda": "Muganda wange awandiika ennyimba wadde nga ye tayimba." }, { "english": "What award was given to the best dancers?", "luganda": "Kirabo ki kye baawadde abazinyi abaasinze?" }, { "english": "As a result of the lockdown the musicians have resorted to online performances.", "luganda": "Omuggalo guleetedde abayimbi okukolera ebivvulu ku yintaneeti." }, { "english": "I enjoy band music.", "luganda": "Nnyumirwa nnyo ennyimba za bbandi." }, { "english": "There are many trending love songs these days.", "luganda": "Ennyimba z'omukwano nnyingi ennaku zino." }, { "english": "Her song was not even among the top hits last year.", "luganda": "Omwaka oguwedde oluyimba lwe terwali na mu nnyimba abantu ze basinga okuwuliriza." }, { "english": "Why do most musicians prefer to use nicknames rather than their real names?", "luganda": "Lwaki abayimbi bangi baagala nnyo okukozesa amannya amalala ge beetuuma mu kifo ky'okukozesa amannya gaabwe gennyini?" }, { "english": "Music is a form of entertainment for most people.", "luganda": "Abantu abasinga obungi beesanyusaamu na nnyimba." }, { "english": "Why is it that most comedians use abusive language?", "luganda": "Lwaki bakazannyirizi abasinga obungi bakozesa olulimi oluvuma?" }, { "english": "I attended the comedy show with my friends in order to relieve some stress.", "luganda": "Nnagenda ne mikwano gyange okulaba bakazannyirizi okusobola okweggyako ekiwuubaalo." }, { "english": "There are some young children that have penetrated the music industry in Uganda.", "luganda": "Waliwo abaana abato abayingidde ekisaawe ky'okuyimba mu Uganda." }, { "english": "Parents should help their children to discover their talents at an early age.", "luganda": "Abazadde basaanidde okuyamba abaana baabwe okuzuula ekitone kyabwe nga bakyali bato." }, { "english": "A new tax was imposed on internet bundles.", "luganda": "Baatadde omusolo omupya ku bbando za intaneeti." }, { "english": "You need the internet to access the different social media platforms.", "luganda": "Weetaaga okuba ne intaneeti okusobola okukozesa emikutu emigattabantu egitali gimu." }, { "english": "The old man is eighty six years old.", "luganda": "Omusajja oyo omuzeeyi alina emyaka kinaana mu mukaaga." }, { "english": "Teachers have contributed to the growth of the education system in Uganda.", "luganda": "Abasomesa bayambye mu kuleetawo enkulaakulana mu by'enjigiriza mu Uganda." }, { "english": "Why do people preach the gospel?", "luganda": "Lwaki abantu babuulira enjiri?" }, { "english": "The memorial service took place at the Cathedral last Friday.", "luganda": "Omugenzi baamusabidde mu Ekkereziya ku Lwokutaano oluwedde." }, { "english": "The old boys and girls of the school participate in some of the school projects.", "luganda": "Abaaliko abayizi b'essomero beenyigira mu zimu ku projekiti z'essomero." }, { "english": "No one knows why she decided to divorce her husband.", "luganda": "Tewali amanyi nsonga lwaki yasalawo okuggatululwa n'omwami we." }, { "english": "My mother has been teaching for over forty years now.", "luganda": "Maama wange amaze emyaka egisukka mu ana nga musomesa." }, { "english": "The Physical Education lesson was always my favorite.", "luganda": "Nnanyumirwanga nnyo emisomo gy'okukola dduyiro." }, { "english": "I can play netball volleyball and table tennis.", "luganda": "Nsobola okuzannya omuzannyo gw'okubaka ogwa volebo n'ogwa ttena ow'oku mmeeza." }, { "english": "She was very popular in school.", "luganda": "Yali mumanyifu nnyo ku ssomero." }, { "english": "Most of the candles are made out of wax and melt when lit.", "luganda": "Emisubbaawa egisinga obungi bagikola mu bubaani era gisaanuuka nga gikoleezeddwa." }, { "english": "The school Chaplain led us in prayer at the assembly.", "luganda": "Omubuulizi w'essomero yatukulembeddemu mu kusaba ku paleedi." }, { "english": "Priests dedicate their lives to serving God.", "luganda": "Ababuulizi bawaayo obulamu bwabwe okuweereza Katonda." }, { "english": "Of what benefit is Bible study to a Christian?", "luganda": "Okuyiga Bayibuli kigasa kitya Omukristaayo?" }, { "english": "My parents are born-again Christians.", "luganda": "Bazadde bange balokole." }, { "english": "She was a kind humble and a very generous person.", "luganda": "Yali muntu wa kisa nga mwetoowaze era nga mugabi." }, { "english": "He loved his wife dearly.", "luganda": "Yali ayagala nnyo mukazi we." }, { "english": "She has always supported the needy people in her community.", "luganda": "Yayambanga nnyo abantu mu kitundu kye abaali mu bwetaavu." }, { "english": "He actively participated in most of the school activities this year.", "luganda": "Yeenyigira mu bintu by'essomero ebisinga obungi omwaka guno." }, { "english": "The security guard walks with his dog and a torch during the night.", "luganda": "Omukuumi atambula n'embwa ye ne ttooki ekiro." }, { "english": "The identical twins can only be distinguished by their mother.", "luganda": "Abalongo abafaanagana ennyo maama waabwe yekka y'asobola okubaawula." }, { "english": "My food order was delivered on time.", "luganda": "Emmere gye nnalagirizza baagireese mu budde." }, { "english": "My friend started up a charity organization to help needy children.", "luganda": "Mukwano gwange yatandikawo ekibiina ekiyamba abatalina mwasirizi." }, { "english": "There will be no school tomorrow because it is a public holiday.", "luganda": "Tewajja kuba kusoma enkya olw'okuba lunaku lukulu." }, { "english": "She is a former student of the school.", "luganda": "Yasomerako mu ssomero eryo." }, { "english": "Different projects have been established to empower women in society.", "luganda": "Waliwo projekiti ezitali zimu ezitandikiddwawo okuyamba abakyala." }, { "english": "Most of the cutlery in her kitchen rusted.", "luganda": "Ebintu ebisinga obungi ebiri mu ffumbiro lye byatalagga." }, { "english": "She never gave up on her studies despite the many challenges.", "luganda": "Teyawanika bya kusoma wadde nga yafuna okusoomooza kungi." }, { "english": "Some early missionaries never returned to their home countries.", "luganda": "Abamu ku baminsani abaasooka tebaddayo mu nsi zaabwe." }, { "english": "What kind of illness is he suffering from?", "luganda": "Bulwadde ki obumuluma?" }, { "english": "He was such an inspiration to most of the youths.", "luganda": "Yali kyakulabirako kirungi nnyo eri abavubuka bangi." }, { "english": "She was chatting with her former friends from school.", "luganda": "Yali anyumyako ne mikwano gye be yasoma nabo." }, { "english": "She was appreciated for her impactful missionary education service.", "luganda": "Yasiimibwa olw'okubeera omuminsani eyayigiriza abantu ebintu ebyabakwatako ennyo." }, { "english": "We sang very beautiful hymns during the service.", "luganda": "Twayimbye ennyimba z'eddiini ennungi ennyo mu kusinza." }, { "english": "She survived a deadly accident.", "luganda": "Yawonyeewo mu kabenje akaabadde ak'amaanyi." }, { "english": "What are some of the hymns we sang in church?", "luganda": "Ezimu ku nnyimba ze twayimbye mu kkanisa ze ziruwa?" }, { "english": "The entire family posed for a picture.", "luganda": "Ab'omu maka bonna beekubisizza ekifaananyi." }, { "english": "After the memorial service we proceeded to the burial place.", "luganda": "Oluvannyuma lw'okusabira omugenzi twagenze mu kifo we baabadde bagenda okumuziika." }, { "english": "Most youths have a great passion for music.", "luganda": "Abavubuka abasinga obungi baagala nnyo ennyimba." }, { "english": "The reverend officially resigned from his ministry this year.", "luganda": "Omubuulizi yalekulidde mu butongole obuweereza bwe omwaka guno." }, { "english": "He led us in praise and worship during service.", "luganda": "Yatukulembeddemu mu kutendereza n'okusinza mu kusaba." }, { "english": "There were some emotional scenes in the movie.", "luganda": "Firimu yabaddemu ebitundu ebikwasa ennaku." }, { "english": "Who was his predecessor?", "luganda": "Yaddira ani mu bigere?" }, { "english": "He trained some women in the media.", "luganda": "Yatendeka abakazi abamu mu by'amawulire." }, { "english": "Women now occupy positions of power unlike before.", "luganda": "Okwawukana nga bwe kyali edda kati abakazi bali mu bifo eby'obuyinza." }, { "english": "All people should be treated equally despite their gender.", "luganda": "Abantu bonna basaanidde okuyisibwa kyenkanyi ka babe bakazi oba basajja." }, { "english": "What should be done to prevent sexual harassment of women at workplaces?", "luganda": "Kiki ekiyinza okukolebwa okuziyiza abakazi okukabasanyizibwa ku mirimu?" }, { "english": "Unlike in the past women's voices matter in society today.", "luganda": "Obutafaananako edda kati ebirowoozo by'abakazi bitwalibwa nga bikulu." }, { "english": "A number of women are employed and working for different media houses in Uganda.", "luganda": "Abakazi abawerako kati balina emirimu era bakolera ku mikutu gy'empuliziganya egitali gimu mu Uganda." }, { "english": "Most universities had their graduation ceremonies earlier this year.", "luganda": "Yunivasite ezisinga obungi zaafuna amatikkira ku ntandikwa y'omwaka guno." }, { "english": "What happens in the newsroom?", "luganda": "Kiki ekibeera eyo gye basomera amawulire?" }, { "english": "Every person has the potential to be successful in life.", "luganda": "Buli muntu alina obusobozi okutuuka ku buwanguzi mu bulamu." }, { "english": "He captured the picture with his phone camera.", "luganda": "Yakubye ekifaananyi ng'akozesa kamera y'essimu ye." }, { "english": "Given the various situations she went through she is now a motivational speaker.", "luganda": "Okusinziira ku mbeera ezitali zimu ze yayitamu kati azzaamu abalala amaanyi." }, { "english": "What are some of the most common words used in English?", "luganda": "Ebimu ku bigambo ebisinga okukozesebwa mu Lungereza bye biruwa?" }, { "english": "His death was sudden and unexpected.", "luganda": "Okufa kwe kwajja mbagirawo nga tekusuubirwa." }, { "english": "He was suddenly ill on Wednesday last week and died four days later.", "luganda": "Yalwala mbagirawo ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde era n'afa nga wayiseewo ennaku nnya." }, { "english": "We eventually became friends since we used to do most of the work together.", "luganda": "Twafuuka ba mukwano olw'okuba emirimu egisinga obungi twali tugikolera wamu." }, { "english": "More media companies have been established in Uganda.", "luganda": "Emikutu gy'empuliziganya mingi gitandikiddwawo mu Uganda." }, { "english": "How can one establish connections?", "luganda": "Omuntu ayinza atya okufuna abamumanyi?" }, { "english": "There are many women employed in the news media industry.", "luganda": "Waliwo abakazi bangi abali mu bitongole by'amawulire." }, { "english": "Women are equally important as men in society.", "luganda": "Abakazi bakulu ng'abasajja." }, { "english": "The media plays a great role in the community we live in.", "luganda": "Emikutu gy'empuliziganya gikola kinene mu bitundu mwe tubeera." }, { "english": "Some countries still segregate women in society.", "luganda": "Mu mawanga agamu abakazi bakyaboolebwa." }, { "english": "Most people's plans were tarnished in two thousand twenty because of the pandemic.", "luganda": "Enteekateeka z'abantu abasinga obungi zaagwa butaka olw'ekirwadde." }, { "english": "There are different categories of journalists.", "luganda": "Waliwo ebiti bya bannamawulire ebitali bimu." }, { "english": "The media houses have employed a number of journalists.", "luganda": "Ebitongole by'amawulire biwadde bannamawulire bangi emirimu." }, { "english": "Uganda has good relations with other African countries.", "luganda": "Enkolagana ya Uganda n'amawanga ga Afirika amalala nnungi." }, { "english": "Women and men have equal opportunities in the media industry today.", "luganda": "Leero abakazi n'abasajja balina omukisa ogwenkanankana mu by'amawulire." }, { "english": "Media is a great source of information for the public.", "luganda": "Emikutu gy'amawulire giyamba abantu okumanya ebintu bingi." }, { "english": "There is improved gender balance in society today.", "luganda": "Leero waliwo ku mwenkanonkano omusaamusaamu mu bantu." }, { "english": "At the time of his death he requested to have a word with his son.", "luganda": "Bwe yali anaatera okufa yasaba ayogereko ne mutabani we." }, { "english": "He has been working for that company for the last seven years.", "luganda": "Abadde akolera kampuni okumala emyaka musanvu egiyise." }, { "english": "Which media companies publish newspapers in Uganda?", "luganda": "Mikutu ki egy'empuliziganya mu Uganda egikuba empapula z'amawulire?" }, { "english": "The news context is usually edited before issuing it for public consumption.", "luganda": "Ebinaaba mu mawulire bisooka kutereezebwamu nga tebinnafulumizibwa eri abantu okubisoma oba okubiwuliriza." }, { "english": "It is said that media employees are paid low salaries.", "luganda": "Kigambibwa nti abakola mu mikutu gy'empuliziganya baweebwa omusaala mutono." }, { "english": "Some people's businesses fail while at the initial stages.", "luganda": "Bizineesi z'abantu abamu zigwa zaakatandika." }, { "english": "What are some of the roles played by journalists?", "luganda": "Egimu ku mirimu bannamawulire gye bakola gye giruwa?" }, { "english": "He was requested to summarize his speech because of time.", "luganda": "Baamusabye ayogere mu bufunze olw'obudde." }, { "english": "It is wise to listen before responding.", "luganda": "Kya magezi okuwuliriza nga tonnayanukula." }, { "english": "The couple went for their honeymoon in Paris.", "luganda": "Omwami ne mukyala we baagenda mu kibuga Paris okuwummulako oluvannyuma lw'embaga yaabwe." }, { "english": "She holds beautiful memories about her father.", "luganda": "Alina ebirungi bingi by'ajjukira ku mwami we." }, { "english": "Uganda is one of the hospitable countries in Africa.", "luganda": "Uganda y'emu ku nsi z'omu Afirika ezisembeza abagenyi." }, { "english": "Many businesses have made losses because of the lockdown.", "luganda": "Nfiiriddwa ssente nnyingi mu bizineesi zange olw'omuggalo." }, { "english": "Women must help each other in terms of economic development.", "luganda": "Abakyala basaanidde okuyambagana basobole okukulaakulana mu by'enfuna." }, { "english": "It is very possible for one to successfully recover from the coronavirus disease.", "luganda": "Kisoboka bulungi omuntu okuwona obulwadde bwa corona." }, { "english": "Some people used herbs to treat coronavirus.", "luganda": "Abantu abamu baakozesa eddagala ly'ekinnaansi okujjanjaba obulwadde bwa corona." }, { "english": "The coronavirus treatment is very expensive.", "luganda": "Kya buseere okujjanjabira obulwadde bwa corona mu ddwaliro." }, { "english": "Some people died of anger during the lockdown.", "luganda": "Abantu abamu baafa enjala mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "After the training the participants were awarded certificates.", "luganda": "Oluvannyuma lw'okutendekebwa abaakwenyigiramu baaweebwa amabaluwa." }, { "english": "Most truck drivers from the neighboring countries tested positive for coronavirus.", "luganda": "Abavuzi ba biroole abasinga obungi okuva mu mawanga ag'oku muliraano baazuulwamu obulwadde bwa corona." }, { "english": "How many coronavirus cases are currently in Uganda?", "luganda": "Kati Uganda erina abalwadde ba corona bameka?" }, { "english": "How were the coronavirus cases handled in Uganda?", "luganda": "Abalwadde ba corona baayisibwa batya mu Uganda?" }, { "english": "The team coach motivated the players before and during the match.", "luganda": "Omutendesi wa ttiimu yakumaakuma abazannyi ng'omupiira tegunnatandika ne bwe gwali gugenda mu maaso." }, { "english": "Some health workers succumbed to coronavirus.", "luganda": "Abasawo abamu baafa obulwadde bwa corona." }, { "english": "How is coronavirus contracted?", "luganda": "Obulwadde bwa corona bukwata butya?" }, { "english": "Very many people in Uganda succumbed to coronavirus this year in June.", "luganda": "Abantu bangi mu Uganda baafa obulwadde bwa corona mu Jjuuni." }, { "english": "It is assumed that some of the covid relief money was embezzled.", "luganda": "Kirowoozebwa nti ezimu ku ssente ezassibwaawo okuyambako abantu mu kiseera ky'ekirwadde kya covid zabbibwa." }, { "english": "How much does a liter of diesel cost in Uganda?", "luganda": "Amafuta ga ddizero gagula ssente mmeka mu Uganda?" }, { "english": "He was arrested for forging false academic documents.", "luganda": "Yakwatibwa olw'okujingirira empapula z'obuyigirize." }, { "english": "Who is the current commander of the land forces in Uganda?", "luganda": "Ani muduumizi w'eggye lya Uganda ery'oku ttaka?" }, { "english": "Not all accusations are true.", "luganda": "Si buli bye balumiriza nti bituufu." }, { "english": "People need money to survive.", "luganda": "Abantu beetaaga ssente okwebeesaawo." }, { "english": "Which is the highest rank in the army?", "luganda": "Ddaala ki erisingayo waggulu mu magye?" }, { "english": "A bigger proportion of the population is ignorant about the law.", "luganda": "Abantu abasinga obungi mu ggwanga tebamanyi bikwata ku mateeka." }, { "english": "Very few criminals can boldly accept their offenses.", "luganda": "Abazzi b'emisango batono abakkiriza emisango gye bazza." }, { "english": "There are a number of laws that govern Uganda.", "luganda": "Mu Uganda mulimu amateeka mangi." }, { "english": "What happens if someone is found guilty of a crime?", "luganda": "Kiki ekibaawo singa kizuulibwa nti omuntu yazza omusango?" }, { "english": "Army criminals are taken to military courts for trial.", "luganda": "Bannamagye abazza emisango bawozesebwa mu kkooti y'amagye." }, { "english": "Appearing before the court is an opportunity for one to prove their innocence.", "luganda": "Okulabika mu maaso ga kkooti kiwa omuntu akakisa okulaga nti talina musango." }, { "english": "He hired private investigators to help him find out his wife's murderers.", "luganda": "Yapangisa kampuni y'obwannanyini okunoonyereza ku kutemulwa kwa mukyala we." }, { "english": "Under what conditions can the court grant one bail?", "luganda": "Kkooti esinziira ku ki okukkiriza omuntu okweyimirirwa?" }, { "english": "Most of the criminals are tried in courts of law.", "luganda": "Abazzi b'emisango abasinga bawozesebwa mu kkooti z'amateeka." }, { "english": "What kind of crimes attract life imprisonment?", "luganda": "Misango ki egiviirako omuntu okusibibwa amayisa?" }, { "english": "The police has a right to arrest anyone.", "luganda": "Poliisi erina obuyinza okukwata buli muntu." }, { "english": "Most policemen stay in the barracks with their families.", "luganda": "Abapoliisi abasinga obungi basula mu bbalakisi n'ab'omu maka gaabwe." }, { "english": "Everywhere in the world people die every day.", "luganda": "Buli wamu mu nsi abantu bafa buli lunaku." }, { "english": "What are some of the new taxes imposed this financial year?", "luganda": "Egimu ku misolo emipya egyassibwawo omwaka guno gye giruwa?" }, { "english": "Every driver on the road must have a driver's license.", "luganda": "Buli muvuzi wa kidduka asaanidde okuba na layisinsi emukkiriza okuvuga ekidduka." }, { "english": "Every vehicle in Uganda has a number plate with a unique registration number.", "luganda": "Buli mmotoka mu Uganda erina nnambapuleeti ya njawulo." }, { "english": "The eyewitnesses were invited to court to testify.", "luganda": "Abajulizi baabayita mu kkooti okuwa obujulizi." }, { "english": "Despite the fact that he had a severe cough he tested negative for coronavirus.", "luganda": "Wadde nga yalina ekifuba kya maanyi tebaamuzuulamu bulwadde bwa corona." }, { "english": "Her uncle had a peaceful death.", "luganda": "Kojja we yafiira mu mirembe." }, { "english": "Some government officials are corrupt.", "luganda": "Abamu ku bakungu ba gavumenti balyi ba nguzi." }, { "english": "Ministry of Health has tried to fight against the spread of coronavirus among Ugandans.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulamu mu Uganda kifubye okulwanyisa ekirwadde kya corona kireme kusaasaana mu bantu." }, { "english": "How are emergency cases handled in hospitals?", "luganda": "Abantu abeetaaga obujjanjabi obw'amangu bakwatibwa batya mu malwaliro?" }, { "english": "Coronavirus tests are taken through the nose or mouth.", "luganda": "Obulwadde bwa corona babukeberera mu nnyindo oba mu kamwa." }, { "english": "The police took the dead body to the hospital for further investigation.", "luganda": "Poliisi yatutte omulambo mu ddwaliro yeeyongere okunoonyereza." }, { "english": "Why do truck drivers travel with an extra person in the vehicle?", "luganda": "Lwaki abavuzi ba biroole batambula n'omuntu omulala mu mmotoka." }, { "english": "I do not think that all police investigations are accurate.", "luganda": "Sirowooza nti okunoonyereza kwa poliisi kwonna kuba kutuufu." }, { "english": "What happens after a patient has tested positive for coronavirus?", "luganda": "Kiki ekibaawo singa omuntu bamuzuulamu obulwadde bwa corona?" }, { "english": "Most of the crimes are investigated by the police.", "luganda": "Emisango egisinga obungi poliisi y'eginoonyerezaako." }, { "english": "Who is the Archbishop of the Church of Uganda?", "luganda": "Ssaabasumba w'ekkanisa ya Uganda y'ani?" }, { "english": "He held a press conference to address the political situation in Uganda.", "luganda": "Yakubye olukungaana lwa bannamawulire okwogera ku mbeera y'eby'obufuzi mu ggwanga." }, { "english": "There are many churches in our area.", "luganda": "Ekitundu kyaffe kirimu amasinzizo mangi." }, { "english": "There are more media houses in Uganda today.", "luganda": "Kati mu Uganda mulimu emikutu gy'amawulire mingi." }, { "english": "Journalists do a tremendous job.", "luganda": "Bannamawulire bakola omulimu munene." }, { "english": "I took most of the pictures with my phone.", "luganda": "Ebifaananyi ebisinga obungi nnabikubisa ssimu yange." }, { "english": "How can I serve God?", "luganda": "Nnyinza ntya okuweereza Katonda?" }, { "english": "God has very many servants all over the world.", "luganda": "Abantu bangi mu nsi baweereza Katonda." }, { "english": "She always gives me gifts on my birthday.", "luganda": "Atera okumpa ebirabo ku mazaalibwa gange." }, { "english": "Maximize every opportunity at hand.", "luganda": "Kozesa mu bujjuvu buli kakisa k'ofuna." }, { "english": "Is journalism a good career?", "luganda": "Kirungi okukola nga munnamawulire?" }, { "english": "The government gave out food and financial aid to the vulnerable during the pandemic.", "luganda": "Abantu abaavu gavumenti yabagabira ssente n'emmere mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "Most churches have resorted to the use of media platforms for Sunday services during this lockdown.", "luganda": "Amakanisa agasinga obungi gasazeewo okukozesa emikutu gy'empuliziganya okukubiriza okusaba kw'oku Ssande mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "He took me out for lunch.", "luganda": "Yantwala okulya eky'emisana." }, { "english": "She was talented at both singing and sports.", "luganda": "Yalina ekitone mu kuyimba ne mu by'emizannyo." }, { "english": "God anointed him with great words of wisdom.", "luganda": "Katonda yamufukako amafuta okwogera ebigambo eby'amagezi." }, { "english": "I think it is better for a marriage counselor to be married.", "luganda": "Ndowooza nti oyo awa amagezi ku bufumbo asaanidde okuba omufumbo." }, { "english": "Most people could not recognize him at all because he had grown thin.", "luganda": "Abantu abasinga obungi baali tebasobola kumutegeera olw'okuba yali akozze nnyo." }, { "english": "Some people minister in the church through the choir.", "luganda": "Abantu abamu obuweereza bwabwe obw'omu kkanisa buba bwa kuyimba mu kwaya." }, { "english": "He sings with expression and passion.", "luganda": "Ayimba n'omutima gwe gwonna." }, { "english": "He can sing as well as play other musical instruments.", "luganda": "Asobola okuyimba era n'okukuba ebivuga." }, { "english": "Most of the hymns I know are in English.", "luganda": "Ennyimba z'eddiini ezisinga obungi ze mmanyi ziri mu Lungereza." }, { "english": "Today's sermon was about salvation.", "luganda": "Okubuulira kwa leero kwabadde kukwata ku bulokozi." }, { "english": "God loves us so much.", "luganda": "Katonda atwagala nnyo." }, { "english": "The poet wrote a poem about his mother.", "luganda": "Omuwandiisi w'ebitontome yawandiise ekitontome ekikwata ku maama we." }, { "english": "How did you express your gratitude?", "luganda": "Walaze otya okusiima kwo?" }, { "english": "The choir entertained the congregation with a poem.", "luganda": "Kwaya yasanyusizza abagoberezi okuyitira mu kitontome." }, { "english": "Her entire family is talented in music.", "luganda": "Ab'omu maka ge bonna balina ekitone mu kuyimba." }, { "english": "How many sons does he have?", "luganda": "Alina abaana ab'obulenzi bameka?" }, { "english": "Where do you fellowship from on Sundays?", "luganda": "Osabira wa ku Ssande?" }, { "english": "Due to the prevalence of the pandemic people have resorted to scientific weddings.", "luganda": "Olw'okuba waliwo ekirwadde kati abantu embaga bakola za sayansi." }, { "english": "There are over thirty people in the choir.", "luganda": "Mu kwaaya mulimu abantu abasukka mu amakumi asatu." }, { "english": "We enjoyed the music festival.", "luganda": "Twanyumiddwa empaka z'okuyimba." }, { "english": "He connected me to a new job.", "luganda": "Yanyamba okufuna omulimu omupya." }, { "english": "She does not tolerate any nonsense.", "luganda": "Ttattira liiso kintu kyonna ekitali kya magezi." }, { "english": "Uganda generates its own electricity.", "luganda": "Uganda yeekolera amasanyalaze gaayo." }, { "english": "Electricity has various benefits but it can equally be dangerous.", "luganda": "Amasanyalaze galina emiganyulo mingi naye era gayinza okuba ag'omutawaana." }, { "english": "He used a certified electrician to wire his home.", "luganda": "Yakozesa ow'amasanyalaze omukugu okuyingiza amasanyalaze mu nnyumba ye." }, { "english": "Any company must have a license from the government before starting its operations in Uganda.", "luganda": "Kampuni yonna erina okuba ne layisinsi okuva mu gavumenti nga tennatandika mirimu gyayo mu Uganda." }, { "english": "She was previously convicted of the same offense.", "luganda": "Gyebuvuddeko awo yasibwa olw'okuzza omusango gwe gumu." }, { "english": "She was once a leader in school.", "luganda": "Yaliko omukulembeze ku ssomero." }, { "english": "There are many industries being established in Uganda.", "luganda": "Mu Uganda mulimu amakolero mangi agatandikiddwamu." }, { "english": "Leaders must guide their subordinates into doing the right things.", "luganda": "Abakulembeze balina okuwa obulagirizi abo be bakulembera okusobola okukola ebintu ebituufu." }, { "english": "Who does not want to be successful in life?", "luganda": "Ani atayagala kubeera bulungi mu bulamu?" }, { "english": "Most students in school fail science subjects.", "luganda": "Abayizi abasinga obungi ku ssomero baggwa essomo lya sayansi." }, { "english": "He enrolled in an engineering course at the university.", "luganda": "Yeewandiisa ku yunivasite okusomerera okuba yinginiya." }, { "english": "After high school she joined a vocation institute.", "luganda": "Bwe yamalako sekendule yagenda kukola koosi." }, { "english": "Makerere university's main campus is located in the district of Kampala.", "luganda": "Ekitebe ekikulu ekya yunivasite y'e Makerere kiri mu disitulikiti ya Kampala." }, { "english": "What course did you study at the university?", "luganda": "Ku yunivasite wasomayo koosi ki?" }, { "english": "There are a number of charity organizations in Uganda today.", "luganda": "Mu Uganda leero mulimu ebibiina by'obwannakyewa bingi." }, { "english": "Is it necessary to have a mentor?", "luganda": "Ddala kyetaagisa okuba n'omuntu akuwa obulagirizi?" }, { "english": "What are the basics of choosing a mentor?", "luganda": "Olonda otya omuntu gw'oyagala akuwe obulagirizi?" }, { "english": "We listed the items we needed to start up the business.", "luganda": "Twawandiika ebintu byonna bye twali twetaaga okusobola okutandika bizineensi." }, { "english": "What role do mentors play?", "luganda": "Abawabuzi bakola mulimu ki?" }, { "english": "She is a registered engineer who has mentored many others in the profession.", "luganda": "Ye yinginiya eyatongozebwa era awadde abantu bangi obulagirizi mu mulimu ogwo." }, { "english": "What is the benefit of having a mentor?", "luganda": "Miganyulo ki egiri mu kuba n'omuwabuzi?" }, { "english": "He comes from the Eastern region of Uganda.", "luganda": "Ava mu Buvanjuba bwa Uganda." }, { "english": "How do organizations give back to society?", "luganda": "Ebibiina biddizza bitya abantu?" }, { "english": "The people's standards of living have changed.", "luganda": "Embeera y'obulamu bw'abantu ekyuse nnyo." }, { "english": "Several groups have come up to empower women by skilling them.", "luganda": "Ebibiina bingi bivuddeyo ne biwa abakazi obusobozi bw'okukola ebintu okuyitira mu kubabangula." }, { "english": "God created us all in His image.", "luganda": "Ffenna Katonda yatutonda mu kifaananyi kye." }, { "english": "Most students have a perception that science subjects are very hard.", "luganda": "Abayizi abasinga obungi balina endowooza nti essomo lya sayansi zibu nnyo." }, { "english": "These days women compete for the same jobs as men.", "luganda": "Ennaku zino abakazi bavuganya n'abasajja ku mirimu gye gimu." }, { "english": "The decisions we make today should be able to benefit future generations.", "luganda": "Bye tusalawo leero bisaanidde okuba nga bijja kuganyula ab'omu mirembe egijja." }, { "english": "Change is sometimes necessary.", "luganda": "Oluusi enkyukakyuka eba yeetaagisa." }, { "english": "What were some of the challenges faced by people during the pandemic?", "luganda": "Kusomooza ki abantu kwe boolekaganye nakwo mu kiseera ky'ekirwadde?" }, { "english": "What are some of the challenges faced by women bosses in different organizations?", "luganda": "Kusomooza ki abakyala abakulira ebitongole ebitali bimu kwe boolekaganye nakwo?" }, { "english": "Social media platforms were shut down in Uganda during this year's general elections.", "luganda": "Emikuttu emigattabantu gyaggalwawo mu Uganda mu kulonda kwa bonna okw'omwaka guno." }, { "english": "It is very difficult to achieve income equality in the country.", "luganda": "Kizibu nnyo mu Uganda abantu okuba n'ennyingiza eyeenkanankana." }, { "english": "The staff members are required to wear uniforms while at work premises.", "luganda": "Abakozi bonna kibeetaagisa okwambala yunifoomu nga bali ku mulimu." }, { "english": "He successfully managed his business.", "luganda": "Yasobola okuddukanya bizineensi ye." }, { "english": "Our house is still under construction.", "luganda": "Ennyumba yaffe ekyazimbibwa." }, { "english": "We need to learn how to balance work and life.", "luganda": "Tulina okuyiga engeri y'okufaayo ku bulamu bwaffe era nga bwe tukola n'emirimu." }, { "english": "It is important for a woman who is working and has a family to balance home and work duties.", "luganda": "Kikulu nnyo omukazi akola okumanya engeri y'okuddukanyaamu emirimu gy'awaka era n'okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ku mulimu." }, { "english": "I advise women to take good care of their families.", "luganda": "Mpa abakazi amagezi okulabirira obulungi ab'omu maka gaabwe." }, { "english": "Some women are devoted to their marriages.", "luganda": "Abakyala abamu beemalidde nnyo ku bufumbo bwabwe." }, { "english": "Married people usually have a lot of responsibilities to accomplish.", "luganda": "Abafumbo batera okuba n'obuvunaanyizibwa bungi obw'okutuukiriza." }, { "english": "She switched off the lights.", "luganda": "Yaggyako amataala." }, { "english": "It is globally proven that women live longer than men.", "luganda": "Mu nsi yonna kimanyiddwa nti abakazi bawangaala okusinga abasajja." }, { "english": "What are some of the roles played by women in a home?", "luganda": "Obumu ku buvunaanyizibwa bw'abakyala mu maka bwe buluwa?" }, { "english": "Most children are introduced to drugs by their peers.", "luganda": "Abaana abasinga obungi mikwano gyabwe gye gibaleetera okukozesa ebiragalalagala." }, { "english": "She lost most of her wealth.", "luganda": "Yafiirwa eby'obugagga bye ebisinga obungi." }, { "english": "Besides his family's history he was determined to make his own legacy.", "luganda": "Ng'oggyeko ebyafaayo by'ab'omu maka ge yali mumalirivu okwekolera ebibye." }, { "english": "Raising children is not an easy task.", "luganda": "Si mulimu mwangu ogw'okukuza abaana." }, { "english": "Her parents passed on last year in a car accident.", "luganda": "Bazadde be baafiira mu kabenje k'emmotoka omwaka oguwedde." }, { "english": "Electricity prices in Uganda are high.", "luganda": "Emiwendo gy'amasanyalaze mu Uganda giri waggulu." }, { "english": "The aim of any company is to satisfy the needs of its customers.", "luganda": "Kampuni yonna eba n'ekiruubirirwa eky'okumatiza bakasitoma baayo." }, { "english": "Modern-day women cook on gas electricity and charcoal stoves.", "luganda": "Abakazi ab'omulembe guno bafumbira ku gaasi ku masanyalaze ne ku ssigiri." }, { "english": "People have different fears in life.", "luganda": "Abantu baba n'ebintu bya njawulo ebibeeraliikiriza mu bulamu." }, { "english": "It is very good to put your trust in God.", "luganda": "Kiba kirungi nnyo okussa obwesige bwo mu Katonda." }, { "english": "Women must be submissive to their husbands.", "luganda": "Abakyala balina okuba abawulize eri abaami baabwe." }, { "english": "Fear is a sign of doubt.", "luganda": "Okutya kuba kabonero ka kubuusabuusa." }, { "english": "With God all things are possible.", "luganda": "Eri Katonda byonna bisoboka." }, { "english": "God's timing is the best.", "luganda": "Ebiseera Katonda by'ataddewo bye bisingayo obulungi." }, { "english": "How often do you read your Bible?", "luganda": "Bayibuli yo otera kugisoma ddi?" }, { "english": "She shared with us her journey to success.", "luganda": "Yatunyumiza engeri gye yatuuka ku buwanguzi." }, { "english": "What do you term success?", "luganda": "Kiki ky'otwala okuba obuwanguzi?" }, { "english": "What have you done to put a smile on people’s faces?", "luganda": "Kiki ky'okoze okuleetera abantu akamwenyumwenyu ku maaso?" }, { "english": "Speak words of hope and be kind to others.", "luganda": "Yogera ebigambo ebiwa abalala esuubi era beera wa kisa eri abalala." }, { "english": "How many players are needed in a basketball team?", "luganda": "Mu ttiimu y'omupiira gw'ensero mulina kubaamu abazannyi bameka?" }, { "english": "Fans get discouraged when their favorite teams lose the match.", "luganda": "Abawagizi baggwaamu amaanyi ttiimu ze basinga okwagala bwe ziwangulwa." }, { "english": "What is the role of a striker on a football team?", "luganda": "Mu ttiimu y'omupiira omuteebi aba na buvunaanyizibwa ki?" }, { "english": "The football team is left with three matches to play.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira esigazizaayo emipiira essatu egy'okuzannya." }, { "english": "Many people betted on different teams during the championship league.", "luganda": "Abantu bangi baasiba ku ttiimu za njawulo mu liigi ya bannantammegwa." }, { "english": "Not all hardworking people are rich.", "luganda": "Tekiri nti abantu bonna abakola ennyo bagagga." }, { "english": "Is it possible to win the game by luck?", "luganda": "Ddala kisoboka omuzannyo okuguwangulira ku kakisa?" }, { "english": "The team lost the game by a few points.", "luganda": "Ttiimu yawangulirwa ku bubonero butono nnyo." }, { "english": "Most men are football fans.", "luganda": "Abasajja abasinga obungi bawagizi ba mupiira." }, { "english": "Every game has rules that must be followed.", "luganda": "Buli muzannyo gulina amateeka gaagwo agalina okugobererwa." }, { "english": "How many marks did you score on the test?", "luganda": "Wafuna makisi mmeka mu kigezo?" }, { "english": "Be very careful when crossing the road.", "luganda": "Beera mwegendereza nnyo ng'osala oluguudo." }, { "english": "We settled all our misunderstandings and decided to move on.", "luganda": "Twagonjoola obutategeragana bwaffe bwonna era ne tusalawo okugenda mu maaso." }, { "english": "The players are given a break during the game.", "luganda": "Abazannyi bawummuzibwamu mu kiseera eky'okuzannya." }, { "english": "Some of the people that participated in the strike were arrested.", "luganda": "Abamu ku bantu abeenyigira mu kwekalakaasa baakwatibwa." }, { "english": "On finding out that his wife was cheating on him he threatened to kill her.", "luganda": "Bwe yakizuula nti mukyala we yali ayenda yamutiisatiisa okumutta." }, { "english": "My little brother is a goalkeeper on the football team.", "luganda": "Muto wange ye mukwasi wa goolo mu ttimu y'omupiira eyo." }, { "english": "The team played five games before making it to the final match.", "luganda": "Ttiimu yazannya emipiira ettaano nga tennayitawo kuzannya gwa kamalirizo." }, { "english": "It is perceived that golf is a game for the rich.", "luganda": "Kirowoozebwa nti omuzannyo gwa goofu gwa bagagga." }, { "english": "Lightning usually strikes during the rainy season.", "luganda": "Laddu etera okukuba mu biseera by'enkuba." }, { "english": "Our team did not qualify for the champions league.", "luganda": "Ttiimu yaffe teyayitawo kuzannya mu liigi ya bannantammegwa." }, { "english": "People have occupied the swampy areas which is a threat to the environment.", "luganda": "Abantu basenze mu bitundu eby'entobazi era nga kino kya bulabe nnyo eri obutonde bw'ensi." }, { "english": "Do not take your life for granted.", "luganda": "Tolagajjalira bulamu bwo." }, { "english": "No team had scored a goal by the end of the second half of the match.", "luganda": "Ekitundu eky'okubiri we kyagwereddeko tewabaddewo ttiimu etteebye goolo." }, { "english": "The team that scores more goals wins the match.", "luganda": "Ttiimu etteeba ggoolo ezisinga obungi y'ewangula." }, { "english": "He got a serious knee injury when he fell into a hole.", "luganda": "Yakosebwa nnyo ku vviivi bwe yaggwa mu kinnya." }, { "english": "We won the volleyball game by five goals on one.", "luganda": "Twawangula omuzannyo gwa voole ku ggoolo ttaano ku emu." }, { "english": "Mathematics was my favorite subject in school.", "luganda": "Bwe nnali nkyasoma nnayagalanga nnyo essomo ly'okubala." }, { "english": "In most sports games there is always a team member defending an opponent.", "luganda": "Mu mizannyo egisinga obungi mu ttiimu mutera okubaamu omuzannyi atangira omulabe." }, { "english": "The lawyer who defended her in court passed away.", "luganda": "Munnamateeka eyamuwolereza mu kkooti yafudde." }, { "english": "What happens if both teams have a similar score from the match?", "luganda": "Kiki ekibaawo singa ttiimu zombi zisibagana?" }, { "english": "He won a gold medal from the Olympics race competitions.", "luganda": "Yawangula omudaali gwa zaabu mu mpaka za olimpiki." }, { "english": "A lion roars while a cock crows.", "luganda": "Empologoma ewuluguma ate enkoko empanga ekkokolima." }, { "english": "What is the role played by the Uganda Wildlife Authority?", "luganda": "Ekitongole ky'ekkuumiro ly'ebisolo kirina buvunaanyizibwa ki?" }, { "english": "He spent his night in the lodge.", "luganda": "Yasula mu loogi." }, { "english": "Who was the first president of Uganda?", "luganda": "Ani yasooka okuba pulezidenti wa Uganda?" }, { "english": "How many national parks are in Uganda?", "luganda": "Mu Uganda mulimu amakkuumiro g'ebisolo ameka?" }, { "english": "The tourism industry of Uganda is growing.", "luganda": "Ekitongole ky'obulambuzi mu Uganda kikyakula." }, { "english": "There is a dead body that was found in the bush.", "luganda": "Waliwo omulambo ogwasangiddwa mu nsiko." }, { "english": "The tourist took photographs of the animals with his camera.", "luganda": "Omulambuzi yakozesa kamera ye okukuba ebifaananyi by'ebisolo." }, { "english": "More roads have been constructed in the country to ease transportation.", "luganda": "Amakubo amalala gazimbiddwa mu ggwanga okusobola okwanguyaako ku by'entambula." }, { "english": "Ugandans need to feel safe in their countries.", "luganda": "Bannayugamba basaanidde okuwulira nga balina obukuumi mu nsi yaabwe." }, { "english": "Buses and taxis are available for public transport.", "luganda": "Bbaasi ne takisi zikozesebwa mu ntambula ey'olukale." }, { "english": "The government has decided to take away guns from the Karamojong.", "luganda": "Gavumenti esazeewo Abakaramoja okubaggyako emmundu." }, { "english": "He managed to make jewelry from beads.", "luganda": "Yasobola okukola amajologera mu mbira." }, { "english": "We went to the studio to take some photographs.", "luganda": "Twagenda mu situdiyo okwekuba ebifaananyi." }, { "english": "People sell goods to get money.", "luganda": "Abantu batunda eby'amaguzi okufuna ssente." }, { "english": "Tourism has contributed to Uganda's Gross Domestic Product.", "luganda": "Eby'obulambuzi bulina kye bukoze ku by'enfuna ya Uganda." }, { "english": "When was the last population census carried out in the country?", "luganda": "Ddi okubala abantu lwe kwasembayo okukolebwa mu ggwanga?" }, { "english": "Why would wild animals migrate from one place to another?", "luganda": "Lwaki ebisolo byandivudde mu kitundu ekimu okudda mu kirala?" }, { "english": "Elephants are hunted for their ivory.", "luganda": "Enjovu ziyigibwa olw'amasanga gaazo." }, { "english": "Uganda has the highest number of buffalos in the world.", "luganda": "Mu nsi yonna Uganda y'erina embogo ezisinga obungi." }, { "english": "There are two types of buffaloes in Uganda.", "luganda": "Mu Uganda mulimu ebikka bibiri eby'embogo." }, { "english": "He works as a tour guide in the national park.", "luganda": "Y'alambza ababa baze okulambula mu kkuumiro ly'ebisolo." }, { "english": "What are some of the seasonal rivers in Uganda?", "luganda": "Emiga egimu mu Uganda egibaawo ebiseera ebimu ate ebirala ne gitabaawo gye giruwa?" }, { "english": "What are some of the animals we find in the national parks?", "luganda": "Ebimu ku bisolo bye tusanga mu kkuumiro ly'ebisolo bye biruwa?" }, { "english": "The lodge charges five hundred eighty United states dollars per night.", "luganda": "Okusula mu loogi eyo ekiro kimu osasula emitwalo attaano mu munaana mu za Amerika." }, { "english": "Lodges are relatively cheaper than hotels.", "luganda": "Loogi zitera kuba za miwendo mitono bw'ogeraageranya ku wooteeri." }, { "english": "Tourists need accommodation facilities when they come to Uganda.", "luganda": "Abalambuzi baba beetaaga aw'okubeera bwe bajja mu Uganda." }, { "english": "The guests at the wedding were entertained by dancers and musicians.", "luganda": "Abagenyi abaali ku mbagga baasanyusibwa abazinyi n'abayimbi." }, { "english": "How should a normal home look like?", "luganda": "Amaka amalungi galina kufaanana gatya?" }, { "english": "We took a tour around the northern part of Uganda.", "luganda": "Twalambula ebitundu eby'omu bukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "Some scientists believe that man evolved from animals.", "luganda": "Bannasayansi abamu bakikkiriza nti abantu baava mu nsolo." }, { "english": "Is it true that a person’s spirit cannot die?", "luganda": "Ddala kituufu nti omwoyo gw'omuntu tegufa?" }, { "english": "Everyone is accountable for their own actions.", "luganda": "Buli muntu avunaanyizibwa ku ngeri gye yeeyisaamu." }, { "english": "Jesus Christ died on the cross and resurrected after three days.", "luganda": "Yesu Kristo yafiira ku musalabba era n'azuukira ku lunaku olw'okusatu." }, { "english": "Some government officials have been arrested for stealing public funds.", "luganda": "Abakungu ba gavumenti abamu bakwatiddwa olw'okubba ssente za gavumenti." }, { "english": "My brother was promoted at his workplace.", "luganda": "Muganda wange yakuzibwa ku mulimu gy'akolera." }, { "english": "None of us chose the parents we have.", "luganda": "Tewali n'omu ku ffe yasalawo azaalibwe abazadde b'alina." }, { "english": "The tour guide toured us around the park.", "luganda": "Omulambuzi yatulambuza ekkuumiro ly'ebisolo lyonna." }, { "english": "Some people have been entrusted to run government organizations.", "luganda": "Abantu abamu baweereddwa obuvunaanyizibwa okuddukanya ebitongole bya gavumenti." }, { "english": "One of the best National Parks in Uganda is located in the northeastern region.", "luganda": "Erimu ku makkuumiro g'ebisolo erisinga obulungi mu Uganda lisangibwa mu bukiikakkono bw'ebuvanjuba." }, { "english": "What are some of the physical features that attract tourists in Uganda?", "luganda": "Ebimu ku bintu ebisikiriza abalambuzi mu Uganda bye biruwa?" }, { "english": "The countries' borders are well guarded by the army.", "luganda": "Ensalo z'eggwanga zikuumibwa bulungi amaggye." }, { "english": "There are very many beautiful things in the world.", "luganda": "Mu nsi mulimu ebintu bingi ebirabika obulungi." }, { "english": "Human beings are full of emotions.", "luganda": "Abantu balina enneewulira." }, { "english": "Animals too mate in order to reproduce.", "luganda": "Ebisolo nabyo byegatta okusobola okuzaala." }, { "english": "I enjoyed watching the animal documentary.", "luganda": "Nnanyumirwa nnyo okulaba firimu y'ebisolo." }, { "english": "Are there elephants in the zoo?", "luganda": "Mu zoo mulimu enjovu?" }, { "english": "A number of vehicles were held up in traffic jam.", "luganda": "Emmotoka nnyingi zaali mu kalipagano k'ebidduka." }, { "english": "I no longer watch horror movies.", "luganda": "Ssikyalaba bifaanannyi ebiriimu ebintu ebitiisa." }, { "english": "Some animals feed on others.", "luganda": "Ebisolo ebimu birya binnabyo." }, { "english": "After marriage the woman is not expected to return home to stay with her parents.", "luganda": "Omukyala bw'amala okufumbirwa tasuubirwa ate kuddayo waabwe kubeera ne bazadde be." }, { "english": "Everyone at the burial site fled when the dead person resurrected.", "luganda": "Buli muntu eyaliwo mu kuziika yadduka omuntu eyali afudde bwe yazuukira." }, { "english": "The lion is one of the major predators in the jungle.", "luganda": "Empologoma y'emu ku bisobolo ebisinga okuyigga binnabyo mu kibira." }, { "english": "The zebra is food to a lion.", "luganda": "Entulege mmere ya mpologoma." }, { "english": "Is goat milk good for human consumption?", "luganda": "Amata g'embuzi gaba malungi okunywebwa abantu?" }, { "english": "The baby was sucking its mother's breast for milk.", "luganda": "Omwana omuwere yali ayonka maama we." }, { "english": "Poaching is an illegal activity that affects the tourism sector.", "luganda": "Kimenya amateeka okuyigga mu kkuumiro ly'ebisolo kubanga kikosa ekitongole ky'eby'obulamguzi." }, { "english": "There are around five thousand elephants in Uganda today.", "luganda": "Leero mu Uganda mulimu enjovu nga enkumi ttaano." }, { "english": "Why do people hunt wild animals?", "luganda": "Lwaki abantu bayigga ebisolo by'omu nsiko?" }, { "english": "What are the benefits of conserving wildlife?", "luganda": "Miganyulo ki egiri mu butasaanyaawo bisolo by'omu nsiko?" }, { "english": "What makes you different from others?", "luganda": "Kiki ekikuleetera okuba ow'enjawulo ku balala?" }, { "english": "What is the best place you have ever visited in Uganda?", "luganda": "Kifo ki ekisingayo obulungi kye wali ogenzeemu mu Uganda?" }, { "english": "Animals protect their young ones from harm.", "luganda": "Ebisolo bikuuma obwana bwabyo buleme kutuukibwako kizibu kyonna." }, { "english": "What are some of the roles played by the game rangers?", "luganda": "Abakuuma ebisolo by'omu nsiko balina buvunaanyizibwa ki?" }, { "english": "Conservation of wildlife has promoted the tourism sector in Uganda.", "luganda": "Okukuuma ebisolo by'omu nsiko kitumbudde eby'obulamuzi mu Uganda." }, { "english": "Most poachers used tools such as guns.", "luganda": "Abayigga mu kkuumiro ly'ebisolo abasinga obungi bakozesa ebintu gamba ng'emmundu." }, { "english": "What qualifications does one need to become a game ranger?", "luganda": "Omuntu okuba omu ku abo abakuuma ebisolo by'omu nsiko alina kuba na bisaanyizo ki?" }, { "english": "We have been married for a year now.", "luganda": "Twakamala omwaka gumu nga tuli bafumbo." }, { "english": "There are very many private schools in Uganda.", "luganda": "Mu Uganda mulimu amasomero mangi ag'obwannanyini." }, { "english": "Peoples are different from animals.", "luganda": "Abantu baawukana ku nsolo." }, { "english": "On average how many tourists visit Uganda in a year", "luganda": "Okutwalira awamu abalambuzi bammeka abajja mu Uganda buli mwaka?" }, { "english": "The tourism sector in Uganda has been greatly affected by the pandemic.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulambuzi mu Uganda kikoseddwa nnyo ekirwadde." }, { "english": "The journey is a two hours drive.", "luganda": "Olugendo lutwala essaawa bbiri ng'ovuga." }, { "english": "Air transport is the most expensive means of transport.", "luganda": "Entambula y'ennyonyi y'esinga okuba ey'ebbeeyi." }, { "english": "It is easier to travel within Uganda by helicopter.", "luganda": "Kyangu okutambulira mu Uganda ng'okozesa ennyonyi eya nnamunkanga." }, { "english": "Good roads improve accessibility to a place and ease transport.", "luganda": "Amakubo amalungi gasobozesa omuntu okutuuka amangu gy'alaga n'okutuuka mu kifo kyonna." }, { "english": "Are monkeys dangerous to people?", "luganda": "Enkima ddala za kabi eri abantu?" }, { "english": "The Uganda Wildlife Authority has tried to boost the tourism sector in the country.", "luganda": "Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukuuma ebisolo by'omu nsiko mu ggwanga kigezezaako okutumbula eby'obulambuzi mu ggwanga." }, { "english": "He negotiated and bought the car at a slightly lower price.", "luganda": "Yateesaganya n'omutunzi w'emmotoka era n'amugulako emmotoka ku miwendo egya wansi." }, { "english": "Foreign tourists bring foreign currency into the country.", "luganda": "Abalambuzi abagwira baleeta ssente z'ebweru mu ggwanga." }, { "english": "Tourists can visit the park any time throughout the year.", "luganda": "Abalambuzi basobola okulambula mu kkuumiro ly'ebisolo ekiseera kyonna okumala omwaka gwonna." }, { "english": "He turned his house into a lodge in order to get money.", "luganda": "Ennyumba ye yagifuula loogi asobole okufuna ssente." }, { "english": "She abandoned her children and got married to another man.", "luganda": "Yasulawo abaana be n'afumbirwa omusajja omulala." }, { "english": "Did you know that time waits for no man?", "luganda": "Obadde okimanyi nti obudde tebulina gwe bulinda?" }, { "english": "Olympics medalists were globally recognized.", "luganda": "Abaawangula emidaali gya olimpiki baamanyika mu nsi yonna." }, { "english": "Uganda is endowed with beautiful nature.", "luganda": "Uganda erina ebintu by'obutonde obulabika obulungi." }, { "english": "What has the government done to improve the tourism and travel industry?", "luganda": "Kiki gavumenti ky'ekoze okwongera okulungiya eby'obulambuzi n'eby'entambula?" }, { "english": "Besides Uganda other countries in Africa have national parks.", "luganda": "Ng'ogyeko Uganda n'ensi endala mu Afirika zirina amakuumiro g'ebisolo." }, { "english": "Uganda has international relations with China.", "luganda": "Uganda erina enkolagana ne China." }, { "english": "What is required for one to become a medical doctor?", "luganda": "Kiki ekyetaagisa omuntu okusobola okufuuka omusawo?" }, { "english": "Government schools in Uganda have extended education services to many children in the community.", "luganda": "Amasomero ga gavumenti mu Uganda gatuusizza eby'enjigiriza eri abaana bangi mu bitundu ebitali bimu." }, { "english": "During her senior six vacation she volunteered to teach at her former school.", "luganda": "Bwe yali mu luwummula lwe olwa sekendule yasomesa nga nnakyewa mu ssomero gye yasomeranga." }, { "english": "Some children fall out of school because their parents cannot afford the school fees.", "luganda": "Abaana abamu bawanduka mu by'okusoma olw'okuba bazadde baabwe tebasobola kubasasulira bisale bya ssomero." }, { "english": "He recently graduated with a master's degree in Information Technology.", "luganda": "Gye buvuddeko awo yattikirwa ddiguli eya masita mu tekinologiya w'eby'empuliziganya." }, { "english": "Medicine can be given through an injection or tablets.", "luganda": "Omuntu asobola okuweebwa eddagala okuyitira mu mpiso oba makerenda." }, { "english": "Some people's history is not pleasant.", "luganda": "Ebyafaayo by'abantu abamu si birungi." }, { "english": "Do you know the meaning of your name?", "luganda": "Omanyi amakulu g'erinnya lyo?" }, { "english": "The previous lockdown lasted for forty two days.", "luganda": "Omuggalo ogubadde gwakabaawo gwali gwa nnaku amakumi ana mu bbiri." }, { "english": "We do not know why she canceled her flight ticket.", "luganda": "Tetumanyi nsonga lwaki yasazaamu tikiti ye ey'ennyonyi." }, { "english": "In the past most blacks were discriminated by whites because of their skin color.", "luganda": "Mu biseera eby'edda abaddugavu abasinga obungi baaboolebwanga bakyeruppe olw'endabika yaabwe." }, { "english": "She wrote an apology letter to me.", "luganda": "Yampandiikira ebbaluwa nga yeetonda." }, { "english": "The company has a good image in the public.", "luganda": "Kampuni erina ekifaananyi kirungi eri abantu." }, { "english": "We go to school to acquire knowledge.", "luganda": "Ku ssomero tugenda kufuna magezi." }, { "english": "It takes humility to make an apology.", "luganda": "Kyetaagisa okuba omuwombeefu okusobola okwetonda." }, { "english": "What is the best way to resolve family conflicts?", "luganda": "Ngeri ki esingayo obulungi ey'okugonjolamu obutategeeragana mu maka?" }, { "english": "The percolator automatically turns off when the water is fully boiled.", "luganda": "Ebbinika ey'amasanyalaze yeggyako yokka amazzi bwe geesera." }, { "english": "The thief disappeared from our sight.", "luganda": "Omubbi yatubulako." }, { "english": "She restored her health after being admitted to the hospital for three days.", "luganda": "Obulamu bwe bwatereera oluvannyumba lw'okuweebwa ekitanda mu ddwaliro okumala ennaku ssatu." }, { "english": "I want to explore the different cultures in Uganda.", "luganda": "Njagala okwekkanya eby'obuwangwa ebitali bimu mu Uganda." }, { "english": "My grandmother is not on social media.", "luganda": "Jjajja wange omukazi tali ku mikuttu emigattabantu." }, { "english": "She deliberately pushed her friend from the building.", "luganda": "Yakigenderera okusindika mukwano ggwe okufuluma ekizimbe." }, { "english": "He was imprisoned in jail for over ten years.", "luganda": "Yasibwa mu kkomera okumala emyaka egisukka mu kkumi." }, { "english": "The practice of racism is inhuman and brings disunity among people.", "luganda": "Obusosoze mu mawanga si kikolwa kya buntu bulamu era kireetawo enjawukana mu bantu." }, { "english": "The prolonged drought led to scarcity of food in the country.", "luganda": "Ekyeya ekyamala ekiseera ekiwanvu kyaleeta enjala mu ggwanga." }, { "english": "She felt ashamed when people laughed at her.", "luganda": "Yawulira ng'aswadde abantu bwe baamusekerera." }, { "english": "Married couples vow to be together till death.", "luganda": "Abafumbo balayira okubeera awamu okutuusa okufa." }, { "english": "Most of the people that participated in the riot were arrested.", "luganda": "Abantu abasinga obungi abeenyigira mu kwekalakaasa baakwatibwa." }, { "english": "How has the prevalence of coronavirus affected the education sector?", "luganda": "Okubeerawo kw'ekirwadde kya korona kikosezza kitya eby'enjigiriza?" }, { "english": "Some employees were laid off from work because of the pandemic.", "luganda": "Abakozi abamu baasalibwako ku mirimu olw'ekirwaddde." }, { "english": "I got a driving permit this year.", "luganda": "Omwaka guno nnafuna pamiti enzikiriza okuvuga emmotoka." }, { "english": "Companies advertise their products in order to acquire new customers.", "luganda": "Amakampuni galanga eby'amaguzi byaago okusobola okufuna bakasitoma abapya." }, { "english": "Public gatherings were stopped as a way of preventing the spread of coronavirus.", "luganda": "Abantu okukungaana awamu kyawerebwa okusobola okutangira okusaasaana kw'ekirwadde kya korona." }, { "english": "Quarantine yourself in case you have symptoms of coronavirus.", "luganda": "Weeyawule ku balala bw'oba ng'olina obubonero bw'ekirwadde kya korona." }, { "english": "This year the president banned the use of Facebook in Uganda.", "luganda": "Omwaka guno pulezidenti yawera omukutu gwa facebook mu Uganda." }, { "english": "The prevalence of coronavirus has affected the economy of Uganda.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kikosezza nnyo eby'enfuna bya Uganda." }, { "english": "My sister invited me to visit her in Germany.", "luganda": "Mwannyinaze yampita mukyalireko e Bugirimaani." }, { "english": "She opened up a restaurant in town.", "luganda": "Yaggulawo ekirabo ky'emmere mu tawuni." }, { "english": "Some Ugandans that travel abroad never return to Uganda.", "luganda": "Bannayuganda abamu abagendako mu nsi z'ebweru tebakomawo mu Uganda." }, { "english": "Chinese have opened up businesses and factories in Uganda.", "luganda": "Abakyayina batandiseewo bizineensi nnyingi n'amakolero mu Uganda." }, { "english": "We shall continue from where we have stopped.", "luganda": "Tujja kutandikira we tukomye." }, { "english": "Have you ever traveled to any country before?", "luganda": "Wali ogenzeeko mu nsi endala?" }, { "english": "Most of the staff quit their jobs because of delayed payments.", "luganda": "Abakozi abasinga obungi baaleka emirimu gyabwe olw'okulwawo okusasulibwa." }, { "english": "The president appointed new ministers this year.", "luganda": "Omwaka guno pulezidenti yalonda baminisita abapya." }, { "english": "Children are greatly affected when their parents separate.", "luganda": "Abaana bakosebwa nnyo bazadde baabwe bwe baawukana." }, { "english": "You must have a passport in order to travel outside the country.", "luganda": "Olina okuba ne paasipoota okusobola okugenda mu nsi endala." }, { "english": "The international schools in Uganda are very expensive.", "luganda": "Amasomero mu Uganda agasomesa abaana abava mu nsi yonna ga bbeeyi nnyo." }, { "english": "Nobody knows exactly when schools shall reopen for in-person classes.", "luganda": "Tewali amanyidde ddala ddi amasomero lwe gannaggulwawo." }, { "english": "He says that his wife's beauty attracted him to her.", "luganda": "Agamba nti endabika ennungi eya mukyala we ye yamusikiriza gy'ali." }, { "english": "Some students at the university pay for their tuition fees.", "luganda": "Abayizi abamu ku yunivasite beesasulira ebisale byabwe eby'essomero." }, { "english": "Some schools did not offer online classes during the second lockdown.", "luganda": "Amasomero agamu tegasomesezza ku mikutu mu kiseera ky'omuggalo ogw'okubiri." }, { "english": "Developed countries have heavily invested in technology.", "luganda": "Ensi ezaakula edda zitadde ssente nnyingi nnyo mu bya tekinologiya." }, { "english": "I sat for my senior four in two thousand twelve.", "luganda": "Siniya ey'okuna nnagituula mu nkumi bbiri mu kkumi n'ebiri." }, { "english": "Most traders in Uganda import their products from China.", "luganda": "Abasuubuzi abasinga obungi mu Uganda eby'amaguzi byabwe babiggya China." }, { "english": "Customers that buy in bulk stand a chance of getting discounts.", "luganda": "Bakasitoma abagula ebintu mu bungi baba n'akakisa okubasalira ku miwendo." }, { "english": "Under what conditions can a school be closed?", "luganda": "Mbeera ki eyinza okuviirako essomero okuggalwawo?" }, { "english": "You can get a mask at one thousand Ugandan shillings only.", "luganda": "Masiki osobola okugifunira ku siringi lukumi zokka mu za Uganda." }, { "english": "It is now mandatory to wear masks while in public.", "luganda": "Kati kya buwaze okwambala masiki ng'oli mu bifo eby'olukale." }, { "english": "He was called to the police station to give a statement.", "luganda": "Yayitibwa ku poliisi okuwa sitatimenti." }, { "english": "Police officers are required to execute their duties while in uniform.", "luganda": "Abapoliisi kibeetaagisa okukola emirimu gyabwe nga bali mu yunifoomu." }, { "english": "Why is it necessary to wear a mask during this season of the pandemic?", "luganda": "Lwaki kyetaagisa okwambala masiki mu kiseera kino eky'ekirwadde?" }, { "english": "He was arrested for not wearing a mask.", "luganda": "Yakwatibwa olw'obutayambala masiki." }, { "english": "Passengers in the taxi are supposed to social distance.", "luganda": "Abasabaze mu takisi balina okwewa amabanga." }, { "english": "How has police implemented the lockdown restrictions?", "luganda": "Poliisi essizza etya mu nkola ebiragiro by'omuggalo?" }, { "english": "Some diseases come as a result of poor hygiene.", "luganda": "Endwadde ezimu zijja lwa bukyaafu." }, { "english": "What are some of the rights of a prisoner?", "luganda": "Erimu ku ddembe omusibe ly'abo nalyo lye liruwa?" }, { "english": "Many youths in Uganda have no jobs.", "luganda": "Abavubuka bangi mu Uganda tebalina mirimu." }, { "english": "He dropped out of school at the age of sixteen years.", "luganda": "Yalekera awo okusoma ng'aweza emyaka egy'obukulu kumi na mukaaga." }, { "english": "What does it take for one to start up their own business?", "luganda": "Kyetaagisa ki omuntu okwetandikirawo bizineensi eyiye ku bubwe?" }, { "english": "He started the car at a very high speed.", "luganda": "Emmotoka yagisimbulira ku spiidi nnene." }, { "english": "The Primary Leaving Examination results were released by the minister of education and sports.", "luganda": "Ebyava mu bigezo by'eky'omusaanvu byafulumizibwa minisita w'eby'enjigiriza n'emizannyo." }, { "english": "Some parents in rural areas cannot afford to take their children to school.", "luganda": "Abazadde abamu mu bitundu eby'omu byalo tebalina busobozi bwa kutwala baana baabwe ku ssomero." }, { "english": "What are some of the tools used for welding?", "luganda": "Ebimu ku bintu ebikozesebwa mu kwokya ebyuuma bye biruwa?" }, { "english": "His brother recommended him for this job.", "luganda": "Muganda we ye yamusemba ku mulimu guno." }, { "english": "You are looking good today.", "luganda": "Olabika bulungi leero." }, { "english": "I trust my mother very much.", "luganda": "Maama wange mwesiga nnyo." }, { "english": "Most jobs want people with experience.", "luganda": "Emirimu egisinga obungi gyagala abantu nga balina obumanyirivu." }, { "english": "It is very easy for a skilled person to become self-employed.", "luganda": "Kyangu nnyo omuntu alina obukugu okwekozesa yekka." }, { "english": "What is the purpose of saving money?", "luganda": "Kigendererwa ki ekiri mu kutereka ssente?" }, { "english": "The old man kept swinging in his chair quietly.", "luganda": "Omusajja omukadde yeewuubiranga ku ntebe ye mpola mpola." }, { "english": "How much did he sell his car?", "luganda": "Emmotoka ye yagitunda ssente mmeka?" }, { "english": "The aim of most businesses is to make profits.", "luganda": "Bizineensi ezisinga obungi zirina kiruubirirwa kya kukola magoba." }, { "english": "Let us be job creators and not job seekers.", "luganda": "Ka tubeere abantu abatandikawo emirimu so si abo abanoonya emirimu." }, { "english": "He pays his house rent on a monthly basis.", "luganda": "Ssente ez'okupangisa ennyumba azisasula buli mwezi." }, { "english": "Why are most men polygamous?", "luganda": "Lwaki abasajja abasinga obungi balina abakazi bangi?" }, { "english": "Fake products are usually cheaper than original products.", "luganda": "Ebintu eby'ebicupuli bigula ssente ntono bw'ogeraageranya n'ebyo ebituufu." }, { "english": "The public transport charges doubled due to government restrictions imposed to stop the spread of coronavirus.", "luganda": "Ab'entambula ey'olukale bakubisaamu ssente ze basaba abantu olw'ebiragiro gavumenti bye yassaawo okusbola okutangira okusaasaana kw'ekirwadde kya korona." }, { "english": "What do you intend to do with your first salary?", "luganda": "Omusaala gwo ogunaasooka oteekateeka kugukolamu ki?" }, { "english": "She achieved her dream of becoming an accountant.", "luganda": "Yatuuka ku kirooto kye eky'okubeera omubalirizi w'ebitabo." }, { "english": "Take good care of yourself.", "luganda": "Weerabirire bulungi." }, { "english": "It is a statutory obligation for citizens to pay taxes.", "luganda": "Kiri mu tteeka bannansi okusasula emisolo." }, { "english": "Vocational schools equip students with different skills.", "luganda": "Amasomero agayigiriza eby'emikono gayamba abayizi okuyiga ebintu ebitali bimu." }, { "english": "I think everyone in this life has faced challenges before.", "luganda": "Nsuubira buli muntu omulamu yali ayolekaganyeeko n'okusomooza." }, { "english": "He revised his classroom notes and passed the examinations.", "luganda": "Yasoma bye yawandiika mu kibiina era n'ayita ebigezo." }, { "english": "Some people advertise their business on social media.", "luganda": "Abantu abamu eby'amaguzi byabwe babirangira ku mikuttu emigattabantu." }, { "english": "The market is ten kilometers away from our home.", "luganda": "Akatale kali kilomita kumi okuva awaka waffe." }, { "english": "Most of his clients take goods on credit.", "luganda": "Abasinga obungi ku bakasitoma be ebintu babitwalira ku mabanja." }, { "english": "Do you prefer wooden or metallic doors?", "luganda": "Oyogala nzigi za mbaawo oba za kyuma?" }, { "english": "People who duplicate other people's products need to be arrested.", "luganda": "Abantu abacupula ebintu by'abalala balina okukwatibwa." }, { "english": "A customer should be treated like a king.", "luganda": "Kasitoma alina okuyisibwa nga kabaka." }, { "english": "Children spend more than seven years in primary school.", "luganda": "Abaana bamala emyaka egisukka mu musanvu nga bali mu pulayimale." }, { "english": "What is the age bracket for youths?", "luganda": "Obuvubuka bukoma ku myaka emmeka?" }, { "english": "What kind of skills do you have?", "luganda": "Bukugu ki bw'olina?" }, { "english": "He has been running his business for ten years now.", "luganda": "Bizineensi ye kati yakagikolera emyaka kumi." }, { "english": "Who is in charge of preparing the national budget?", "luganda": "Ani avunaanyizibwa okuteekateeka embalirira y'eggwanga?" }, { "english": "Make sure that you wear a clean mask.", "luganda": "Kakasa nti oyambala masiki ennyonjo." }, { "english": "The judge will make his ruling next week.", "luganda": "Omulamuzi ajja kuwa ensala ye wiiki ejja." }, { "english": "The Uganda flag has a crested crane in the middle.", "luganda": "Bbendera ya Uganda eriko ngaali wakati." }, { "english": "Security officials strongly guard the president of Uganda.", "luganda": "Ab'eby'okwerinda bakuuma nnyo pulezidenti wa Uganda." }, { "english": "The band matched around the village.", "luganda": "Aba bbandi baakumba nga beetooloola ekyalo." }, { "english": "The birds built a nest in the tree.", "luganda": "Ebinnyonyi byazimba ebisu byabyo ku muti." }, { "english": "The examination will last for three hours.", "luganda": "Ekigezo kijja kutwala essaawa ssatu." }, { "english": "Girls experience body changes when they get into the adolescent stage.", "luganda": "Abawala bafuna enkyukakyuka mu mibiri gyabwe bwe batuuka mu kiseera kya kaabuvubuka." }, { "english": "Companies work hard to protect their brands.", "luganda": "Kampuni zikola n'amaanyi okusobola okukuuma ebintu byabyo." }, { "english": "During the lockdown most employees got an opportunity to work from home.", "luganda": "Mu kiseera ky'omuggalo abakozi abasinga obungi baafuna akakisa okukolera awaka." }, { "english": "She is usually very busy from Monday to Friday.", "luganda": "Atera kukola nnyo okuviira ddala ku Bbalaza okutuuka ku Lwokutaano." }, { "english": "Some companies were closed because they did not renew their licenses.", "luganda": "Kampuni ezimu zaggalwawo kubanga tezazza bugya layisensi zaazo." }, { "english": "Uganda registered its first coronavirus case in March two thousand twenty.", "luganda": "Mu Maaki wa nkumi bbiri mu abiri Uganda lwe yasooka okufuna omulwadde w'ekirwadde kya korona." }, { "english": "He finally changed his mind about the divorce.", "luganda": "Yamala n'akyusa endowooza ye ku bikwata ku kugattululwa." }, { "english": "We forced her to take the medication.", "luganda": "Twamuwaliriza okufuna obujjanjabi." }, { "english": "Do you know how to use a computer?", "luganda": "Omanyi okukozesa kompyuta?" }, { "english": "What can government do to fight cybercrime?", "luganda": "Kiki gavumenti ky'eyinza okukola okulwanyisa obumenyi bw'amateeka obukolebwa ku mikuttu gya yintaneeti?" }, { "english": "I sent him a message via his email address.", "luganda": "Nnamuweereza obubaka ku aduleesi ye ey'oku mukuttu gwa yintaneeti." }, { "english": "We did our examinations under remote invigilation.", "luganda": "Ebibuuzo twabikola naye ng'abatulabirira tebali naffe awo." }, { "english": "What is the date today?", "luganda": "Leero ennaku z'omwezi ziri mmeka?" }, { "english": "Computers are expensive gadgets.", "luganda": "Kompyuta zigula buwanana." }, { "english": "Never share your bank pin with anyone.", "luganda": "Pini yo eya bbanka togiwanga muntu yenna." }, { "english": "He has a special connection to his children.", "luganda": "Alina enkolagana ya njawulo nnyo n'abaana be." }, { "english": "We exchanged our phone contacts for further communication.", "luganda": "Twawanyisiganya ennamba z'amasimu tusobole okuwuliziganya." }, { "english": "Computers use different software applications.", "luganda": "Komputa zikozesa pulogulaamu za njawulo." }, { "english": "I logged into my email address using his computer.", "luganda": "Nnakozesa kompyuta ye okugenda ku email yange." }, { "english": "All his children are successful.", "luganda": "Abaana be bonna bali bulungi." }, { "english": "Technology has influenced change in the production sector.", "luganda": "Tekinologiya aleeseewo enkyukakyuka mu mirimu abantu gye bakola." }, { "english": "She requested for more soup in order to finish her food.", "luganda": "Yasaba suppu omulala asobole okumalawo emmere ye." }, { "english": "We received over one hundred applications for the same job.", "luganda": "Twafuna abantu abasukka mu kikumi abaawaayo okusaba kwabwe ku mulimu gwe gumu." }, { "english": "He spent all the money on buying new clothes.", "luganda": "Ssente zonna yazikozesa mu kugula ngoye mpya." }, { "english": "Companies have heavily invested in technology.", "luganda": "Amakampuni gatadde ssente nnyingi nnyo mu tekinologiya." }, { "english": "Cheap products are sometimes not of good quality.", "luganda": "Oluusi ebintu eby'ebbeeyi eya wansi tebiba birungi." }, { "english": "Why do people move from villages to towns?", "luganda": "Lwaki abantu bava mu byalo ne badda mu bibuga?" }, { "english": "Vaccinated people can still contract coronavirus.", "luganda": "N'abantu abagemeddwa basobola okukwatibwa ekirwadde kya korona." }, { "english": "You reap what you sow.", "luganda": "Okungula ky'osiga." }, { "english": "There has been an advancement in technology.", "luganda": "Wabaddewo okukulaakulana mu bya tekinologiya." }, { "english": "My brother is an auditor.", "luganda": "Muganda wange mubalirizi wa bitabo." }, { "english": "How many football teams participated in the champion league?", "luganda": "Ttiimu mmeka ez'omupiira ezeenyigira mu liigi ya bannantammegwa?" }, { "english": "It is very painful to lose a match.", "luganda": "Kiruma nnyo okuwangulwa." }, { "english": "He converted from Islam to Christianity.", "luganda": "Yakyuka okuva mu Busiraamu n'afuuka Omukristaayo." }, { "english": "Some companies have closed their operations in Uganda.", "luganda": "Kampuni ezimu ziggaddewo emirimu gyagyo mu Uganda." }, { "english": "The table tennis ball is smaller than the ball used for football.", "luganda": "Akapiira akakozesebwa mu muzannyo gwa tennis kaba katono nnyo ku ogow ogw'ebigere." }, { "english": "He lost money in sports betting.", "luganda": "Yafiirwa ssente mu zaala w'okusiba ku mizannyo." }, { "english": "We booked a hotel room for the night.", "luganda": "Twekwata ekisenge mu wooteeri ey'okusulamu." }, { "english": "Some people are suffering from broken hearts.", "luganda": "Abantu abamu baamenyeka omutima." }, { "english": "She is his former wife.", "luganda": "Ye yali mukyala we." }, { "english": "A united team has the potential to accomplish a lot.", "luganda": "Ttiimu bw'ebeera obumu eba esobola okutuuka ku kiruubirirwa kyayo." }, { "english": "What is the best way to conserve fish?", "luganda": "Ngeri ki esingayo obulungi ey'okukuumamu ebyennyanja ne bitayonooneka?" }, { "english": "I reserved for him a seat next to me.", "luganda": "Nnamukwatira entebe okumpi nange." }, { "english": "I think suffering will never end in this world.", "luganda": "Nze ndowooza nti okubonaabona tekulikoma mu nsi eno." }, { "english": "What are some of the tools found in a first aid box?", "luganda": "Ebimu ku bintu ebisangibwa mu kasanduuko akabaamu obujjanjabi obusookerwa bye biruwa?" }, { "english": "The aeroplane shall be landing this night.", "luganda": "Ennyonyi ejja kutuuka ekiro kya leero." }, { "english": "Patients need medical attention while in the hospital.", "luganda": "Abalwadde beetaaga okujjanjabibwa nga bali mu ddwaliro." }, { "english": "There is inadequate medicine in some public hospitals.", "luganda": "Mu malwaliro ga gavumenti agamu temuli ddagala limala." }, { "english": "Doctors wear protective gear like gloves and masks when offering treatment to the patient.", "luganda": "Abasawo baambala ebintu gamba nga masiki ne giraavu nga bajjanjaba omulwadde." }, { "english": "We rushed her to the hospital when she fainted.", "luganda": "Twamuddusa mu ddwaliro bwe yazirika." }, { "english": "The doctor gave him some medicine that put him to sleep.", "luganda": "Omusawo alina eddagala lye yamuwa eryamuleetera okwebaka." }, { "english": "How much money did you spend on your trip?", "luganda": "Ssente mmeka ze wakozesa ku lugendo lwo." }, { "english": "The team didn't score any goal during the first half of the match.", "luganda": "Ttiimu teyateeba ggoolo yonna mu kitundu ekisooka eky'omuzaanyo." }, { "english": "The ball went offside whenever he tried to make a score.", "luganda": "Buli lwe yagezaako okuteeba ggoolo omupiira gwagendanga bweeru." }, { "english": "She was very happy and excited about everything that was going on.", "luganda": "Yali musanyufu nnyo olw'ebyo byonna ebyali bigenda mu maaso." }, { "english": "National heroes day is celebrated on an annual basis in June.", "luganda": "Olunaku lw'abazira lukwatibwa buli mwaka mu mwezi gwa Jjuuni." }, { "english": "He cannot afford to buy a plot of land at the moment.", "luganda": "Mu kiseera kino talina busobozi bwa kugula ttaka." }, { "english": "This is his final year at the university.", "luganda": "Guno gwe mwaka gwe ogusembayo mu yunivasite." }, { "english": "He stayed awake till midnight yesterday.", "luganda": "Jjo yasigala atunula okutuukira ddala mu ttumbi." }, { "english": "People are given first names based on their religions.", "luganda": "Abantu baweebwa amannya gaabwe agasooka okusinziira ku ddiini yaabwe." }, { "english": "The football team has eleven players.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira erina abazannyi kumi n'omu." }, { "english": "The table was made of glass.", "luganda": "Emmeeza yakolebwa mu giraasi." }, { "english": "Playing games on the phone is sometimes addictive.", "luganda": "Guyinza okufuuka omuzze okuzannya emizannyo gy'oku ssimu." }, { "english": "The number of coronavirus cases in the country has reduced.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu abakwatibwa ekirwadde kya korona mu ggwanga gukendedde." }, { "english": "There are very many buyers and sellers in the market.", "luganda": "Mu katale mulimu abantu bangi abagula n'abatunda ebintu." }, { "english": "What do you think is the cause of traffic jam on most roads?", "luganda": "Olowooza kiki ekiviirako obulipagano bw'ebidduka mu nguudo ezisinga obungi?" }, { "english": "Why did government call for a lockdown during the pandemic season?", "luganda": "Lwaki gavumenti yassaawo omuggalo mu kiseera ky'ekirwadde?" }, { "english": "We helped him push his car off the road.", "luganda": "Twamuyamba okusindika emmotoka ye okuva ku kkubo." }, { "english": "She deliberately refused to answer him when he greeted her.", "luganda": "Yakigenderera obutamuddamu bwe yamubuuza." }, { "english": "He was born and raised in Kampala city.", "luganda": "Yazaalibwa era n'akuzibwa mu kibuga ky'e Kampala." }, { "english": "There is a lot of congestion in Kampala downtown.", "luganda": "Waliwo omugotteko mungi mu bitundu ebyetooloodde Kampala." }, { "english": "I bought a new pair of shoes from town yesterday.", "luganda": "Jjo nnagula engato empya mu tawuni." }, { "english": "Some Ugandans have never been to Kampala before.", "luganda": "Bannayuganda abamu tebatuukangako Kampala." }, { "english": "Thieves have tactics of breaking padlocks without keys.", "luganda": "Ababbi balina obukoddyo bw'okumenya enzigi nga tebakozesezza bisumuluzo." }, { "english": "Bicycle riders need to be very careful while on the road.", "luganda": "Abavuzi b'amagaali balina okwegendereza ennyo nga bali ku nguudo." }, { "english": "While lifting the lockdown motorcycle riders were directed to carry only one passenger.", "luganda": "Omuggalo bwe gwali gugibwawo abavuzi ba pikipiki baalagirwa okusitula omusabaze omu yekka." }, { "english": "Her mother got a stall in the new market.", "luganda": "Maama we yafuna omudaala mu katale akapya." }, { "english": "It is said that an idle mind is the devil's workshop.", "luganda": "Kigambibwa nti omuntu bw'abeera awo nga talina ky'alowoozaako dayimooni zimuyingiramu." }, { "english": "Some police officers are very corrupt.", "luganda": "Abapoliisi abamu balyi b'enguzi." }, { "english": "He had just joined senior one when schools were closed.", "luganda": "Yali yakayingira siniya esooka amasomero bwe gaggalwawo." }, { "english": "There are lots of prizes to win during the competition.", "luganda": "Waliwo ebirabo bingi eby'okuwangula mu kuvuganya." }, { "english": "He has never played any sports game all his life.", "luganda": "Tazannyangako muzannyo gwonna obulamu bwe bwonna." }, { "english": "Only the winner will take the trophy back home.", "luganda": "Omuwanguzi yekka y'ajja okutwala ekikopo." }, { "english": "What are some of the ways one can maintain personal hygiene?", "luganda": "Ebimu ku bintu omuntu by'ayinza okukola okuba omuyonjo bye biruwa?" }, { "english": "My brother does not like to shower.", "luganda": "Muganda wange tayagala kunaaba." }, { "english": "The parents' meeting is scheduled to take place tomorrow in the school main hall.", "luganda": "Olukiiko lw'abazadde lutegekeddwa okubaawo enkya mu kisenge ky'essomero." }, { "english": "It is an honor to meet you.", "luganda": "Nsanyuse nnyo okukusisinkana." }, { "english": "She leaned forward to whisper something in my ear.", "luganda": "Yakutamako n'ankuba akaama." }, { "english": "I do not know how to pronounce her name.", "luganda": "Ssimanyi kwatula linnya lye." }, { "english": "He was arrested for revealing government secrets to the public.", "luganda": "Yakwatibwa olw'okwasanguza ebyama bya gavumenti." }, { "english": "My mother always comments on my dress code.", "luganda": "Maama wange atera okubaako ky'ayogera ku nnyambala yange." }, { "english": "His salary is paid through the bank.", "luganda": "Omusaala gwe gusasulwa mu bbanka." }, { "english": "The negative comments from the public made her quit music.", "luganda": "Ebintu ebitali birungi abantu bye bamwogerako byamuleetera okwabulira okuyimba." }, { "english": "We cannot all have the same opinion on something.", "luganda": "Ffenna tetuyinza kuba na ndowooza y'emu ku kintu." }, { "english": "She has lost too much weight this year.", "luganda": "Akozze nnyo omwaka guno." }, { "english": "What do you do in your free time?", "luganda": "Okola ki mu biseera byo eby'eddembe?" }, { "english": "The coach has worked hard towards establishing the team spirit among the players.", "luganda": "Omutendesi akoze nnyo okusobola okuteekawo omwoyo omulungi mu bazannyi." }, { "english": "He has accumulated millions of savings on his bank account.", "luganda": "Awezezza obukadde n'obukadde bwa ssente ku akawunta ye eya bbanka." }, { "english": "Whenever the team scored a goal the fans would celebrate.", "luganda": "Buli ttiimu lwe yateebanga ggoolo abawagizi nga bajjaganya." }, { "english": "We did not find out what was in the envelope because it was thoroughly sealed.", "luganda": "Tetwamanya kyali mu bbaasa kubanga yali esibiddwa n'enywerera ddala." }, { "english": "She is the odd man out in the group.", "luganda": "Tatuukana nabo." }, { "english": "My father always returns home when he is very tired.", "luganda": "Taata bulijjo akomawo ekka ng'akooye nnyo." }, { "english": "I missed the morning lesson because of the heavy rain.", "luganda": "Nnasuubiddwa okusoma kw'oku makya olw'enkuba eyabadde effuddemba." }, { "english": "The referee awarded our team a penalty kick.", "luganda": "Difiiri yawa ttiimu yaffe pena." }, { "english": "She accidentally dropped her phone in the water.", "luganda": "Yasuula essimu ye mu mazzi nga tagenderedde." }, { "english": "Which team won the champions league last year?", "luganda": "Ttiimu ki eyawangula liigi ya bannantammegwa omwaka oguwedde?" }, { "english": "The coach knows how to get results from his team.", "luganda": "Omutendesi amanyi ky'ayinza okukola abazannyi okusobola okuzannya obulungi." }, { "english": "I think there is no one who does not dream during his or her sleep.", "luganda": "Nze ndowooza nti tewali muntu ataloota nga yeebase." }, { "english": "The men were trained on how to use guns.", "luganda": "Abasajja baatendekewa ku ngeri y'okukozesaamu emmundu." }, { "english": "The casualties had severe injuries.", "luganda": "Abaali mu kabenje baafuna ebisago eby'amaanyi." }, { "english": "I wish she gets well soon.", "luganda": "Mwagaliza kuwona mangu." }, { "english": "We used a table knife to cut the cake.", "luganda": "Twakozesa akambe ak'oku mmeeza okusala keeki." }, { "english": "He earned a lot of money from his piggery project.", "luganda": "Yafuna ssente nnyingi nnyo mu pulojeekiti ye ey'okulunda embizzi." }, { "english": "One of his arms was cut off.", "luganda": "Ogumu ku mikono gye gwatemebwako." }, { "english": "The mass vaccination against the coronavirus is ongoing in the country.", "luganda": "Okugema abantu okw'ekikungo kugenda mu maaso mu ggwanga." }, { "english": "He fell on his knees to ask for forgiveness.", "luganda": "Yafukamira n'asaba ekisonyiwo." }, { "english": "Seriously injured players are substituted during the match.", "luganda": "Abazannyi ababa bafunye ebisago eby'amaanyi baggyibwamu abalala ne bayingira." }, { "english": "We knocked at the door but no one opened it.", "luganda": "Twakonkona ku lugi naye tewali yaggulawo." }, { "english": "He scored the highest mark in the test.", "luganda": "Yafuna obubonero obusinga okuba obwa waggulu mu kigezo." }, { "english": "Her speech was so lengthy and boring.", "luganda": "Yayogera ebigambo bingi ate nga tebizimba." }, { "english": "February is my birth month.", "luganda": "Nnazaalibwa mu Febwali." }, { "english": "We watched the football game from the television.", "luganda": "Omupiira twagulabira ku ttivi." }, { "english": "Money is scarce because people's needs are unlimited.", "luganda": "Ssente zibuze kubanga ebyetaago by'abantu tebikoma." }, { "english": "I wished him a happy new year.", "luganda": "Nnamwagaliza omwaka omuggya." }, { "english": "I like to drink cold water on hot days.", "luganda": "Nnjagala okunywa amazzi aganyogogga ng'obudde bwa bbugumu." }, { "english": "There is stiff competition in the job market today.", "luganda": "Waliwo okuvuganya kwa maanyi nnyo leero ku mirimu." }, { "english": "He does not work on Saturday.", "luganda": "Takola ku Ssande." }, { "english": "Rebels attacked the village and killed some people.", "luganda": "Abayeekera baalumba ekyalo n'e batta abantu abamu." }, { "english": "She scored a goal in the last minute of the game.", "luganda": "Yateeba ggoolo mu ddakiika essembayo mu muzannyo." }, { "english": "One of the witnesses was very nervous during the court session.", "luganda": "Omu ku bajulizi yali yeeraliikiridde nnyo mu kkooti." }, { "english": "What keeps you busy during the day.", "luganda": "Biki by'oba okolako mu lunaku?" }, { "english": "He drove off the car at a very high speed.", "luganda": "Emmotoka yagivugira ku sipiidi nnene." }, { "english": "Her children look very miserable.", "luganda": "Abaana be baali balabika bubi nnyo." }, { "english": "He deserved a very big punishment.", "luganda": "Yali aggwaana kibonerizo kinene nnyo." }, { "english": "Only three people were seated on the bench.", "luganda": "Abantu basatu bokka be baali batudde ku foomu." }, { "english": "Sunday is a holy day.", "luganda": "Olunaku lwa Ssande luba lutukuvu." }, { "english": "A few weeks after the interview she was called in to start working.", "luganda": "Nga wayiseewo wiiki ntono bukya akola yintaviyu yayitibwa okutandika okukola." }, { "english": "She wants to buy a new car.", "luganda": "Ayagala kugula mmotoka mpya." }, { "english": "We were very pleased to host the bishop at our home.", "luganda": "Twasanyuka nnyo okukyaza bisoopu mu maka gaffe." }, { "english": "The match will be played at the national stadium.", "luganda": "Omupiira gujja kuzannyibwa mu kisaawe ky'eggwanga." }, { "english": "He has a very weird character.", "luganda": "Alina engeri embi." }, { "english": "The netball team is made up of senior two students.", "luganda": "Ttiimu y'ababasi erimu abayizi ba siniya ey'okubiri." }, { "english": "She broke up with her boyfriend.", "luganda": "Yayawukana ne muganzi we." }, { "english": "Lightning struck him dead.", "luganda": "Laddu yamukuba n'afa." }, { "english": "He threw a party as a way of celebrating his victory.", "luganda": "Yakola akabaga okusobola okujjaganya olw'obuwanguzi." }, { "english": "After breastfeeding she took the baby to bed.", "luganda": "Bwe yamala okuyonsa omwana yamutwala ku kitanda." }, { "english": "We only picked ripe mangoes from the tree.", "luganda": "Ku muti twawanulako miyembe myengevu gyokka." }, { "english": "The car knocked down a motorcyclist at the corner of the road.", "luganda": "Emmotoka yatomera omuvuzi wa pikipiki ku kkona ly'ekkubo." }, { "english": "The injured player was carried on a stretcher to the ambulance.", "luganda": "Omuzannyi eyali akoseddwa baamusitulira ku katanda n'atwalibwa mu ambyulensi." }, { "english": "Which international football team do you support?", "luganda": "Ttiimu ki ey'omupiira ogw'ensi yonna gy'owagira?" }, { "english": "He got a chance of going back to school but he misused it.", "luganda": "Yafuna akakisa okuddayo okusoma naye yakakozesa bubi." }, { "english": "The heart surgery was successful.", "luganda": "Okulongoosa omutima kwagenda bulungi." }, { "english": "A standard football game is ninety minutes long.", "luganda": "Omuzannyo gw'omupiira gulina kumala ddakiika kyenda." }, { "english": "Seventh-day Adventists do not pray on Sunday like other Christians.", "luganda": "Abasevenisidde tebasaba ku Ssande ng'Abakristaayo abalala." }, { "english": "It is assumed that the coronavirus pandemic started in China.", "luganda": "Kirowoozebwa nti ekirwadde kya korona kyatandikira China." }, { "english": "Most weddings are held over the weekend.", "luganda": "Embagga ezisinga obungi zibaawo ku wiikendi." }, { "english": "He is a skilled football player.", "luganda": "Ye muzannyi w'omupiira omutendeke." }, { "english": "Very few women have an interest in football.", "luganda": "Abakazi batono nnyo abaagala omupiira gw'ebigere." }, { "english": "By the end of this month we expect the president to lift some of the coronavirus restrictions.", "luganda": "Ku nkomerero y'omwezi guno tusuubira pulezidenti okuggyawo obukwakulizo obumu obukwata ku kirwadde kya korona." }, { "english": "She plaited her hair.", "luganda": "Yasiba enviiri ze." }, { "english": "He looks ugly with the unshaved beard.", "luganda": "Alabika bubi nga tasazeeko bireevu." }, { "english": "Do not stay in the company of the wrong people.", "luganda": "Tobeera mu kibiina ky'abantu ababi." }, { "english": "What can I do to keep my body healthy?", "luganda": "Kiki kye nnyinza okukola okwekuuma nga ndi mulamu?" }, { "english": "My grandmother trained me on how to weave mats.", "luganda": "Jjajja wange omukazi yangiriza okuluka omukeeka." }, { "english": "Why are some medical surgeries not successful?", "luganda": "Lwaki okulongoosebwa okumu tekugenda bulungi?" }, { "english": "He withdrew three hundred thousand Uganda shillings from his bank account.", "luganda": "Ku akawunta ye eya bbanka yaggyako emitwalo amakumi asatu." }, { "english": "As a way of keeping my body fit I go jogging every Sunday morning.", "luganda": "Okusobola okukuuma omubiri gwange nga mulamu bulungi nziruka buli ku Ssande ku makya." }, { "english": "We thought that the schools will be reopening next week.", "luganda": "Tubadde tulowooza nti amasomero gajja kuggulwawo wiiki ejja." }, { "english": "Our netball team did not make it to the finals.", "luganda": "Ttiimu yaffe ey'okubaka teyasodde kutuuka ku gy'akamalirizo." }, { "english": "He drew a picture of his mother.", "luganda": "Yakuba ekifaananyi kya maama we." }, { "english": "Footballers use their legs to play with the ball.", "luganda": "Abazannyi b'omupiira bakozesa bigere byabwe okuzannya omupiira." }, { "english": "He failed because the examination questions were difficult for him to understand.", "luganda": "Yaggwa kubanga ebibuuzo byamuzibuwalira okutegeera." }, { "english": "I only watch the news on the television.", "luganda": "Amawulire ngalaba ku ttivi kwokka." }, { "english": "On Wednesday she will be traveling abroad.", "luganda": "Ku Lwokusatu ajja kugenda mu nsi z'ebweeru." }, { "english": "How many aggregates did he attain in his Primary Leaving Examinations?", "luganda": "Bubonero bummeka bwe yafuna mu bigezo bye eby'ekibiina ky'eky'omusanvu?" }, { "english": "He is an anointed man of God.", "luganda": "Musajja wa Katonda eyafuukibwako amafuta." }, { "english": "The pandemic season has affected the global economy.", "luganda": "Ekiseera ky'ekirwadde kikosezza nnyo eby'enfuna by'ensi yonna." }, { "english": "Her father did not attend her introduction ceremony.", "luganda": "Kitaawe teyaliiwo ku mukolo gw'okwanjula kwe." }, { "english": "Forget your past and look forward.", "luganda": "Weerabire ebyayita otunuule mu maaso." }, { "english": "Britain broke away from the European Union", "luganda": "Bungereza yava mu mukago gwa Bulaaya." }, { "english": "He wants to go for further studies.", "luganda": "Ayagala kweyongerayo kusoma." }, { "english": "The thieves stole everything in the house and left it empty.", "luganda": "Ababbi babba ebintu byonna mu nnyumba ne bagireka nga nkalu." }, { "english": "How come that most basketball players are tall?", "luganda": "Lwaki kiri nti abazannyi b'ensero abasinga obungi baba bawanvu?" }, { "english": "What is the normal body temperature?", "luganda": "Omubiri gusaanidde kuba na bbugumu lya kigero ki?" }, { "english": "He is hopeful that God will help him.", "luganda": "Asuubira nti Katonda ajja kumuyamba." }, { "english": "Countries like Tanzania did not believe in the prevalence of coronavirus.", "luganda": "Ensi nga Tanzania tezaakikkiriza nti waliwo ekirwadde kya korona." }, { "english": "When the match is a draw no one wins.", "luganda": "Ttiimu bwe zisibagana waba tewali awangudde." }, { "english": "He was the fourth in class.", "luganda": "Yali wa kusatu mu kibiina." }, { "english": "Tanzania is not a landlocked country like Uganda.", "luganda": "Tanzania teyeetoolooddwa nsi ndala nga Uganda." }, { "english": "How can we control the spread of diseases in society?", "luganda": "Tuyinza tutya okutangira okusaasana kw'endwadde mu kitundu?" }, { "english": "The old woman lost most of her teeth.", "luganda": "Omukazi omukaddde amannyo ge agasinga obungi gaavaamu." }, { "english": "The face mask should cover the mouth and the nose.", "luganda": "Masiki erina okubikka ku mimwa ne ku nnyindo." }, { "english": "The minister advised the people to practice social distancing especially when they are in public places.", "luganda": "Minisita yawa amagezi abantu b'omu kitundu okwewa amabanga nga bali mu bifo eby'olukale." }, { "english": "The referee uses a whistle to give instructions.", "luganda": "Omusazi w'omupiira akozesa ffirimbi okuwa obulagirizi." }, { "english": "She has no one to play with at home.", "luganda": "Talina gw'azannya naye ekka." }, { "english": "Countries like Uganda are landlocked.", "luganda": "Ensi nga Uganda zeetoolooddwa ensi endala." }, { "english": "International football players have fans globally.", "luganda": "Abazannyi b'omupiira ab'ensi yonna balina abawagizi mu nsi yonna." }, { "english": "At what time did you set the appointment?", "luganda": "Akalagaane wakakoze ssaawa mmeka?" }, { "english": "The cup is too small for him.", "luganda": "Akakopo katono nnyo ku ye." }, { "english": "Tanzania's president-elect died this year.", "luganda": "Pulezidenti wa Tanzaniya omulonde yaffiira mu guno omwaka." }, { "english": "What causes a heart attack?", "luganda": "Kiki ekiviirako omutima okulwala?" }, { "english": "Is it true that all leadership comes from God?", "luganda": "Kituufu nti obukulembeze bwonna buva eri Katonda?" }, { "english": "She won the Olympics race competitions for the first time in her life.", "luganda": "Yawangula empaka z'okudduka mu olimpiki omulundi ogwasookera ddala mu bulamu bwe." }, { "english": "Is Burundi part of the East African Community?", "luganda": "Burundi nayo eri mu East African Community?" }, { "english": "He spent four years at the university.", "luganda": "Yamala emyaka ena ku yunivasite." }, { "english": "How much is a coronavirus test?", "luganda": "Ekirwadde kya korona bakikeberera ssente mmeka?" }, { "english": "The coronavirus vaccine is given on the left hand.", "luganda": "Eddagala erigema ekirwadde kya korona likubwa ku mukono ogwa kkono." }, { "english": "The government managed to procure some coronavirus vaccines.", "luganda": "Gavumenti yasobola okufunako ku ddagala erigema ekirwadde kya korona." }, { "english": "This government has been in power for a long period of time.", "luganda": "Gavumenti eno ebadde mu buyinza okumala ebbanga ddene nnyo." }, { "english": "The government should open places of worship.", "luganda": "Gavumenti essaanidde eggulewo amasinzizo." }, { "english": "How can one best prepare for his job interview?", "luganda": "Omuntu asobola atya okwetegekera obulungi yintaviyu?" }, { "english": "The Member of Parliament donated masks and an ambulance to the hospital.", "luganda": "Omubaka wa palamenti yawa eddwaliro masiki ne ambyulensi." }, { "english": "The school has been renovated during this time of the lockdown.", "luganda": "Essomero liddaabiriziddwa mu kiseera kino eky'omuggalo." }, { "english": "Most of the bars have shut down because of the pandemic.", "luganda": "Ebbaala ezisinga obungi ziggaddwawo olw'ekirwadde." }, { "english": "Over eighty ministers were appointed by the president this year.", "luganda": "Omwaka guno pulezidenti yalonda baminisita abasukka mu kinaana." }, { "english": "The public has put pressure on the ministry of education and sports to reopen schools.", "luganda": "Abantu batadde akazito ku minisitule y'eby'enjigiriza n'emizannyo eggulewo amasomero." }, { "english": "Why do we need budgets?", "luganda": "Lwaki twetaaga embalirira?" }, { "english": "It is okay to be selfish sometimes.", "luganda": "Oluusi kiba kirungi okwefaako wekka." }, { "english": "Which course do you plan to do at the university?", "luganda": "Koosi ki gy'oyagala okukola ku yunivasite?" }, { "english": "Will candidates sit for their final national examinations this year?", "luganda": "Abayizi bannaakola ebigezo byabwe eby'akamalirizo omwaka guno?" }, { "english": "What was included in the budget?", "luganda": "Biki ebyali mu mbalirira?" }, { "english": "How has the education sector contributed to Uganda's economy?", "luganda": "Ekitongole ky'eby'enjigiriza kikoze ki okusobola okutumbula eby'enfuna bya Uganda?" }, { "english": "The government has tried to fight against coronavirus in Uganda.", "luganda": "Gavumenti egezezaako okulwanyisa ekirwadde kya korona mu Uganda." }, { "english": "She went to the hospital to test for cancer.", "luganda": "Yagenda mu ddwaliro okumukebera ekirwadde kya kookolo." }, { "english": "The rate of school dropout is most likely to increase due to coronavirus.", "luganda": "Omuwendo gw'abaana abawanduka mu kusoma gulabika gujja kweyongera nnyo olw'ekirwadde kya korona." }, { "english": "Which hospitals test for coronavirus?", "luganda": "Malwaliro ki agakebera ekirwadde kya korona?" }, { "english": "What is the coronavirus test kit made up of?", "luganda": "Bye bakozesa okukebera ekirwadde kya korona bizingiramu ki?" }, { "english": "Everyone entering the country by plane should test for coronavirus at the airport.", "luganda": "Buli muntu akozesa ennyonyi okuyingira eggwanga alina okukeberebwa ekirwadde kya korona ku kisaawe ky'ennyonyi." }, { "english": "The president promised to increase the health workers' salaries this year.", "luganda": "Pulezidenti yasuubiza okwongeza omusaala gw'abasawo omwaka guno." }, { "english": "What roles are played by the permanent secretary in government organizations?", "luganda": "Buvunaanyizibwa ki abawandiisi b'enkalakalira bwe balina mu bitongole bya gavumenti?" }, { "english": "How much would it cost me to build a house?", "luganda": "Kinneetaagisa ssente mmekka okuzimba ennyumba?" }, { "english": "After failing to pay rent he moved to the village.", "luganda": "Bwe yalemererwa okusasula ez'obupangisa yagenda mu kyalo." }, { "english": "What was the role of the National coronavirus Taskforce?", "luganda": "Abo abalina obuvunaanyizibwa ku bikwata ku kirwadde kya korona okwetooloola eggwanga lyonna baalina mulimu ki?" }, { "english": "Why did the Ministry of Health provide a toll-free number?", "luganda": "Lwaki minisitule y'eby'obulamu yassaawo ennamba y'essimu kw'okuba nga tosasudde?" }, { "english": "I think universities should be reopened.", "luganda": "Nze ndowooza nti yunivasite zirina okuggulwawo." }, { "english": "The school owners have requested the government to help them reopen schools.", "luganda": "Bannanyini masomero basabye gavumenti ebayambe eggulewo amasomero." }, { "english": "During last year's lockdown schools were used as quarantine centers.", "luganda": "Mu muggalo gw'omwaka oguwedde amasomero gaakuumirwangamu abantu abaabanga bateereddwa ku kalantiini." }, { "english": "It is recommended to maintain a meters distance from one another.", "luganda": "Kiba krungi okussaawo ebbanga lya mita okuva ku muntu omulala." }, { "english": "Uganda has been hit by the second wave of coronavirus.", "luganda": "Uganda erumbiddwa ekirwadde kya korona omulundi ogw'okubiri." }, { "english": "What are the basic needs of man?", "luganda": "Ebyetaago by'omuntu ebisinga obukulu bye biruwa?" }, { "english": "Who heads the Ministry of Health?", "luganda": "Ani akulembera ekitongole ky'eby'obulamu?" }, { "english": "Uganda is a developing country.", "luganda": "Uganda nsi ekyakula." }, { "english": "There were two children per desk in the classroom.", "luganda": "Mu kibiina buli foomu yaliko abaana babiri." }, { "english": "The public is encouraged to follow the health guidelines.", "luganda": "Abantu bakubirizibwa okugoberera obulagirizi obubaweebwa ab'eby'obulamu." }, { "english": "Some teachers have decided to quit the teaching profession because of the pandemic.", "luganda": "Abasomesa abamu basazeewo okwabulira omulimu gw'okusomesa olw'ekirwadde." }, { "english": "Most of the security issues were resolved during the meeting.", "luganda": "Ensonga ezisinga obungi ezikwata ku by'okwerinda zaagonjolebwa mu lukungaana." }, { "english": "Coronavirus is a threat to our body's immunity.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kitaataganya obulamu bwaffe." }, { "english": "We scheduled a meeting for Monday morning.", "luganda": "Twakoze enteekateeka okuba n'olukungaana ku Bbalaza ku makya." }, { "english": "He publicized his relationship with her.", "luganda": "Yayatuukiriza enkolagana gy'alina naye." }, { "english": "Stop comparing yourself with others.", "luganda": "Leekera awo okwegeraageranya ku balala." }, { "english": "This coronavirus disease will one day be history.", "luganda": "Kino ekirwadde kya korona olumu kijja kubeera lufumo bufumo." }, { "english": "How did you understand the message?", "luganda": "Obubaka wabutegedde otya?" }, { "english": "The game resumed after the break.", "luganda": "Omuzannyo gwaddamu oluvannyuma lw'okuwummulamu." }, { "english": "What is the capital city of Tanzania?", "luganda": "Ekibuga ekikulu ekya Tanzania kye kiruwa?" }, { "english": "He was holding the money in his hands.", "luganda": "Ssente yali azikutte mu ngalo ze." }, { "english": "What are the benefits of planning ahead of time?", "luganda": "Miganyulo ki egiri mu kukola enteekateeka nga bukyali?" }, { "english": "There are very many young mothers these days.", "luganda": "Ennaku zino waliwo abazadde bangi abato mu myaka." }, { "english": "Avoid taking things for granted.", "luganda": "Weewale okwesuulirayo ogwannagamba ku bintu." }, { "english": "She was elected as the head girl of the school.", "luganda": "Yalondebwa okuba omukulembeze w'abawala ku ssomero." }, { "english": "The employees appreciated his good leadership.", "luganda": "Abakozi baasiima nnyo obukulembeze bwe." }, { "english": "The arrest of South Africa's former president caused riots in the country.", "luganda": "Okukwata oyo eyaliko pulezidenti wa South Africa kyavaako okwekalakaasa mu ggwanga eryo." }, { "english": "You will need permission from your parents in order to go for the trip.", "luganda": "Kijja kukwetaagisa okufuna olukusa okuva eri bazadde bo okusobola okugenda ku lugendo luno." }, { "english": "There are a number of countries on the African continent.", "luganda": "Mu ssemazinga wa Afirika mulimu ensi nnyingi." }, { "english": "Madagascar is like an island.", "luganda": "Madagascar eringa kizinga." }, { "english": "We played five matches before making it to the finals.", "luganda": "Twazannya emipiira ettaano nga tetunnayitawo kuzannya egy'akamalirizo." }, { "english": "I think we have chosen the right person to lead the football team.", "luganda": "Nze ndowooza nti tulonze omuntu omutuufu okusobola okukulembera ttiimu y'omupiira." }, { "english": "He led us in prayer before we had dinner.", "luganda": "Yatukulembera mu kusaba nga tetunnalya mmere." }, { "english": "It is said that eagles have a good sight.", "luganda": "Kigambibwa nti empungu ziraba nnyo." }, { "english": "His friend comes from Zambia.", "luganda": "Mukwano ggwe ava mu Zambia." }, { "english": "How can one's level of maturity be determined?", "luganda": "Kisinziira ku ki okugamba nti omuntu yeeyisa kikulu?" }, { "english": "Under what conditions can one attain the title of a \"Doctor\"?", "luganda": "Mbeera ki eziyinza okuviirako omuntu okufuna ekitiibwa kya \"Dokita\"?" }, { "english": "Champions have every reason to celebrate.", "luganda": "Abawanguzi baba n'ensonga ebaleetera okujjaganya." }, { "english": "A land title is proof of land ownership.", "luganda": "Ekyappa kye kikakasa obwannanyini bw'ettaka." }, { "english": "The president of Uganda promised to improve the roads in Eastern Uganda.", "luganda": "Pulezidenti wa Uganda yasuubiza okulongoosa enguudo z'Ebuvanjuba bwa Uganda." }, { "english": "How many football clubs are in Uganda?", "luganda": "Ttiimu mmeka ez'omupiira eziri mu Uganda?" }, { "english": "He acquired a land title registered in his name.", "luganda": "Yafuna ekyappa ky'ettaka nga kiri mu mannya ge." }, { "english": "What is the role played by local leaders in the community?", "luganda": "Abakulembeze b'ekyalo bakola mulimu ki?" }, { "english": "Only the winner will be awarded.", "luganda": "Omuwanguzi yekka y'ajja okuweebwa ekirabo." }, { "english": "He canceled their wedding.", "luganda": "Yasazaamu embagga yaabwe." }, { "english": "While still in primary seven she selected secondary schools of her choice.", "luganda": "Bwe yali akyali mu pulayimale yeerondera amasomero aga siniya ge yali ayagala." }, { "english": "He participated in singing competitions.", "luganda": "Yeenyigira mu mpaka z'okuyimba." }, { "english": "Some countries in the Northern part of African have light-skinned people.", "luganda": "Ensi ezimu eziri mu Bukiikaddyo bwa Afirika zirimu abantu abeeru." }, { "english": "There are civil wars in South Sudan.", "luganda": "Mu Sudan ow'Ebukiikakono eriyo olutalo olw'omunda." }, { "english": "He won me by ten marks only.", "luganda": "Yampangulira ku bugoba kumi bwokka." }, { "english": "He was arrested for failing to pay back a loan.", "luganda": "Yakwatibwa olw'okulemererwa okusasula ssente ze yeewola." }, { "english": "The projects will run for a period of two months.", "luganda": "Pulojeekiti ejja kumala emyezi ebiri." }, { "english": "We slashed the grass in the compound.", "luganda": "Twasaawa omuddo ku luggya." }, { "english": "He academically excelled in school.", "luganda": "Yalinga mugezi nnyo ku ssomero." }, { "english": "Why did companies lay off some of their workers during the pandemic?", "luganda": "Lwaki amakampuni gaasalako abamu ku bakozi mu kiseera ky'ekirwadde?" }, { "english": "What are some of the advantages of competition?", "luganda": "Egimu ku miganyulo egiri mu kuvuganya gye kiruwa?" }, { "english": "The national budget is prepared every financial year.", "luganda": "Embalirira y'eggwanga etegekebwa mu buli mwaka gw'eby'enfuna." }, { "english": "Some students did have enough money to pay for their university tuition.", "luganda": "Abayizi abamu baalina ssente ezimala okwesasulira ebisale bya yunivasite." }, { "english": "As a way of managing your finances well you can come up with a personal budget.", "luganda": "Bw'oba oyagala okukwata obulungi ssente zo oyinza okuba n'embalirira." }, { "english": "Even developed countries have been negatively affected by coronavirus.", "luganda": "N'ensi ezaakula edda zaakosebwa ekirwadde kya korona." }, { "english": "How have the people of Uganda benefited from the lockdown?", "luganda": "Bannayuganda baganyuddwa batya mu muggalo?" }, { "english": "What are the conditions of joining a university in Uganda?", "luganda": "Bukwakkulizo ki obulina okutuukirizibwa okusobola okuyingira yunivasite mu Uganda?" }, { "english": "My best friend stole money from that company.", "luganda": "Mukwano ggwange asingayo okuba ow'okulusegere yabba ssente za kampuni eyo." }, { "english": "The case was dismissed from the court because of insufficient evidence.", "luganda": "Omusango gwagobwa mu kkooti olw'obutabaawo bujulizi bumala." }, { "english": "The government should pay its employees in time.", "luganda": "Gavumenti erina okusasula abakozi baayo mu budde." }, { "english": "She advised prostitutes to distance themselves from truck drivers.", "luganda": "Yawa bamalaaya amagezi obuteewa nnyo bavuzi ba biroole." }, { "english": "Some truck drivers were infected with coronavirus.", "luganda": "Abavuzi ba biroole abamu baakwatibwa ekirwadde kya korona." }, { "english": "The Ministry of Health informed Ugandans about the dangers of coronavirus disease.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulamu kyategeeza Bannayuganda ku kabi akali ku kirwadde kya korona." }, { "english": "My sister was given twenty million Ugandan shillings as payment for the advert.", "luganda": "Mwannyinaze yaweebwa obukadde amakumi abiri obwa ssente za Uganda ng'asasulwa olw'ekirango." }, { "english": "Some hospitals ran out of oxygen during the lockdown.", "luganda": "Amalwaliro agamu gaagwaamu omukka gwa oxygen mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "The government has tightened the security in Western Uganda.", "luganda": "Gavumenti ennywezezza eby'okwerinda mu Bugwanjuba bwa Uganda." }, { "english": "That security officer impregnated my neighbor's daughter.", "luganda": "Omukulu w'eby'okwerinda oyo yafunyisa olubuto muwala wa muliraanwa wange." }, { "english": "The security guard was dismissed for sleeping at work.", "luganda": "Omukuumi yagobebwa olw'okwebakira ku mulimu." }, { "english": "My sister was raped by the rebels.", "luganda": "Abayeekera baasobya ku mwannyinaze." }, { "english": "They were divorced after ten years of marriage.", "luganda": "Baagattululwa oluvannyuma lw'okumala emyaka kkumi mu bufumbo." }, { "english": "The government is recruiting people in the army.", "luganda": "Gavumenti ewandiisa abantu mu maggye." }, { "english": "The president promoted five hundred army officers.", "luganda": "Pulezidenti yakuza abajaasi bitaano." }, { "english": "My sister was forced to get married to that rich man.", "luganda": "Mwannyinze yawalirizibwa okufumbirwa omusajja oyo omugagga." }, { "english": "My uncle was shot by the criminals.", "luganda": "Abazigu baakuba kojja wange amasasi." }, { "english": "The police retrieved a bomb from the city center.", "luganda": "Poliisi yategula bbomu mu kibuga wakati." }, { "english": "The people of Northern Uganda lost their lives during the war.", "luganda": "Abantu b'omu Bukiikakkono bwa Uganda baafiirwa obulamu bwabwe mu kiseera ky'olutalo." }, { "english": "The government purchased weapons from Russia.", "luganda": "Gavumenti yagula eby'okulwanyisa okuva e Russia." }, { "english": "There is congestion in the city.", "luganda": "Mu kibuga mulimu omujjuzo." }, { "english": "The president appointed new security officers in the government agencies.", "luganda": "Pulesidenti yalonda ba ofiisa b'eby'okwerinda abapya mu bitongole bya gavumenti." }, { "english": "Some politicians said that the police is working with criminals.", "luganda": "Bannabyabufuzi abamu baagamba nti abapoliisi bakolagana n'abazzi b'emisango." }, { "english": "The bomb killed eighty five people.", "luganda": "Bbomu yatta abantu kinaana mu bataano." }, { "english": "They played three football matches in one week.", "luganda": "Baazannya emipiira esatu mu wiiki emu." }, { "english": "They walked off the football pitch after being racially abused", "luganda": "Baafuluma ekisaawe bwe baamala okuvumirira enfaanana yaabwe." }, { "english": "My uncle is the leading all time goal scorer in the Uganda premier league.", "luganda": "Kojja wange y'asinga okuteeba ggoolo ennyingi mu pulimiya liigi ya Uganda." }, { "english": "He won the world football player of the year award.", "luganda": "Ye yawangula awaadi ey'ensi yonna ey'omuzannyi w'omupiira eyasinga okuzannya obulungi mu mwaka." }, { "english": "Our goalkeeper saved two penalties.", "luganda": "Omukwasi waffe owa ggoolo yatuwonya pena za mirundi ebiri." }, { "english": "The football players were not allowed to meet with their families.", "luganda": "Abazannyi b'omupiira tebaakkirizibwa kusisinkana ba mu maka gaabwe." }, { "english": "My uncle died last year.", "luganda": "Kojja wange yafa omwaka oguwedde." }, { "english": "That football team scored a goal in the first minute of the game.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira eyo yateeba ggoolo mu ddakiika essembayo." }, { "english": "He is the best referee in the Uganda premier league.", "luganda": "Ye musazi w'omupiira asinga obulungi mu pulimiya liigi ya Uganda." }, { "english": "That football stadium is under construction.", "luganda": "Ekisaawe ky'omupiira ekyo kizimbibwa." }, { "english": "The World Cup tournament happens every after four years.", "luganda": "Empaka z'omupiira ez'ensi yonna zibaawo buli luvannyuma lwa myaka ena." }, { "english": "The basketball coach was not pleased with the performance of his players.", "luganda": "Omutendesi w'omupiira gw'ensero teyali musanyufu na mutindo gw'abazannyi be." }, { "english": "That is the richest football team in Uganda.", "luganda": "Eyo ye ttiimu y'omupiira esinga obugagga mu Uganda." }, { "english": "They did not have money to pay their players.", "luganda": "Tebaalina ssente za kusasula bazannyi baabwe." }, { "english": "That striker got a shoulder injury one month ago.", "luganda": "Omuzannyi oyo yafuna ebisago ku kibegaabega omwezi gumu oguyise." }, { "english": "The National football team is not well facilitated.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira ey'eggwanga terabirirwa bulungi." }, { "english": "The president of Congo was infected with coronavirus.", "luganda": "Pulezidenti wa Congo yakwatibwa ekirwadde kya korona." }, { "english": "With the return of the Uganda premier league football fans will be entertained.", "luganda": "Olw'okuba pulimiya liigi ya Uganda ezzeemu abawagizi b'omupiira bajja kusanyusibwa nnyo." }, { "english": "Some cinema halls in Uganda show football games.", "luganda": "Ebisenge ebimu omulagirwa sineema mu Uganda biraga emizannyo gy'omupiira." }, { "english": "Our National football team qualified for next year's Africa cup of nations.", "luganda": "Ttiimu yaffe ey'omupiira ey'eggwanga yayitawo okuzannya ogwa Afirika omwaka ogujja." }, { "english": "They got the biggest sponsorship deal in East Africa.", "luganda": "Baafuna siponsa ya maanyi nnyo mu East Afrika." }, { "english": "The government stopped the movement of private cars throughout the country.", "luganda": "Gavumenti yayimiriza entambula y'emmotoka z'obwannanyini mu ggwanga lyonna." }, { "english": "The basketball team sold off all their seasonal tickets.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira gw'ensero yatunda tikiti zonna mu sizoni yaabwe." }, { "english": "Our football match was delayed by thirty minutes.", "luganda": "Omuzannyo gwaffe ogw'omupiira gwalwisibwawo eddakiika amakumi asatu okutandika." }, { "english": "The football players died in a plane crash.", "luganda": "Abazannyi b'omupiira baafiira mu kabenje k'ennyonyi." }, { "english": "That football manager has a habit of smoking during the match.", "luganda": "Maneja w'omupiira oyo alina omuzze gw'okunywa sigala ng'omuzannyo gugenda mu maaso." }, { "english": "My brother won the African motor cross championship.", "luganda": "Muganda wange yawangula empaka z'emmotoka eza Afirika eza bannantammeggwa" }, { "english": "The government refused to give him a working permit.", "luganda": "Gavumenti yagaana okumuwa ebbaluwa emukkiriza okukola." }, { "english": "The government should allocate more funds towards sports activities.", "luganda": "Gavumenti erina okuteeka ssente ezimala mu by'emizannyo." }, { "english": "My uncle will undergo a knee surgery.", "luganda": "Kojja wange ajja kulongoosebwa evviivi." }, { "english": "Most people do not watch the Uganda premier league games.", "luganda": "Abantu abasinga obungi tebalaba mizannyo gya Uganda egya pulimiya liigi." }, { "english": "That was the easiest football game they have played this season", "luganda": "Ogwo gwe mupiira ogukyasinzeeyo obwangu gwe bazannye mu sizoni eno." }, { "english": "That basketball team has young players.", "luganda": "Ttiiimu eyo ey'omupiira gw'ensero erimu abazannyi abato mu myaka." }, { "english": "Most football stadiums in Uganda are not well facilitated.", "luganda": "Ebisaawe by'omupiira ebisinga obungi mu Uganda tebirabirirwa bulungi." }, { "english": "The stadium accommodates fifty thousand people.", "luganda": "Ekisaawe ky'omupiira ekyo kituuzza abantu emitwalo ettaano." }, { "english": "My friend has lost his grandmother.", "luganda": "Mukwano ggwange affiiriddwa jjajjawe omukazi." }, { "english": "My neighbor was strangled by unknown men.", "luganda": "Muliraanwa wange yatugibwa abasajja abatamanyiddwa." }, { "english": "The volleyball stadium was filled with water when it rained.", "luganda": "Ekisaawe ky'omupiira gw'ensero kyajjula amazzi enkuba bwe yatonya." }, { "english": "Our football coach needs to change his tactics.", "luganda": "Omutendesi waffe ow'omupiira alina okukyusa obukaddyo." }, { "english": "My brother is the highest paid basketball player in the world.", "luganda": "Muganda wange ye muzannyi w'omupiira gw'ensero asinga okusasulwa ssente ennyingi mu nsi yonna." }, { "english": "My father's company employs more than fifty workers.", "luganda": "Kampuni ya taata wange erina abakozi abasukka mu amakumi attaano." }, { "english": "They should sign up players who fit in their football philosophy.", "luganda": "Basaanidde okufuna abazannyi abatuukana n'endowooza yaabwe." }, { "english": "My cousin resigned from his job.", "luganda": "Kizibwe wange yalekulira omulimu gwe." }, { "english": "They lost the Uganda cup final to city rivals.", "luganda": "Ttiimu y'ekibuga yabawangula mu mpaka ez'akamalirizo eza Uganda cup." }, { "english": "The Germans were defeated in the Second World War.", "luganda": "Abagirimaani baawangulwa mu Ssematalo ow'Okubiri." }, { "english": "My brother was given a one year contract extension.", "luganda": "Kontulakita ya muganda wange yayongezebwayo omwaka gumu." }, { "english": "My friend was ruled out of today's volleyball game.", "luganda": "Mukwano ggwange yasazibwamu mu abo abannaazannya omupiira gw'ensero leero." }, { "english": "My father is the best midfielder in the world.", "luganda": "Mu nsi yonna kitange ye muzannyi asinga okuzannya wakati." }, { "english": "Most teams in Uganda are renting football stadiums.", "luganda": "Ttiimu ezisinga obungi mu Uganda zipangisa bupangisa ebisaawe mwe zizannyira." }, { "english": "Our basketball team does not have money to buy players.", "luganda": "Ttiimu yaffe ey'omupiira gw'ensero terina ssente za kugula bazannyi." }, { "english": "The company revenue increased by twenty five percent this year.", "luganda": "Amagoba kampuni yaffe g'efuna geeyongera ebitundu abiri mu bitaano ku buli kikumi omwaka guno." }, { "english": "The owner invested heavily in that basketball team.", "luganda": "Nnannyini ttiimu eyo ey'omupiira gw'ensero yateekamu ssente nnyingi nnyo." }, { "english": "The court was adjourned until fifth June.", "luganda": "Kkooti yayongezebwayo okutuusa nga ttaano jjuuni." }, { "english": "He spends most of his time drinking alcohol.", "luganda": "Ebiseera bye ebisinga obungi abimalira mu kunywa mwenge." }, { "english": "The kickboxer won the match by knockout.", "luganda": "Omuzannyi w'ebikonde eby'ensambaggere yawangula omuzannyo bwe yakuba munne ekya tonziriranga." }, { "english": "He was given a three match ban.", "luganda": "Yakugirwa okuzannya emizannyo essatu." }, { "english": "He is the best football player on the African continent.", "luganda": "Ye muzannyi w'omupiira asinga obulungi mu ssemazinga wa Afirika." }, { "english": "Some hospitals in Uganda lack enough medical officers.", "luganda": "Amalwaliro agamu mu Uganda tegalina basawo bamala." }, { "english": "He played eighty five games for the Uganda cranes.", "luganda": "Yazannyira Uganda cranes emizannyo kinaana mu ettaano." }, { "english": "My friend goes to the gym every day.", "luganda": "Mukwano gwange agenda mu gyimu buli lunaku." }, { "english": "He scored the best goal in the Uganda premier league.", "luganda": "Yateeba ggoolo esingayo obulungi mu liigi ya Uganda eya pulimiya." }, { "english": "Our football team spends three hundred million Ugandan shillings on players' salaries annually.", "luganda": "Ttiimu yaffe ey'omupiira esaasaanya obukadde bisatu obw'ensimbi za Uganda ku misaala gy'abazannyi buli mwaka." }, { "english": "Some players in the Uganda premier league do not train.", "luganda": "Abazannyi abamu mu liigi ya Uganda eya pulimiya tebeetendeka." }, { "english": "The basketball team recruited new medical doctors.", "luganda": "Ttiiimu y'omupiira gw'ensero yafuna abasawo abapya." }, { "english": "That football team won twenty consecutive games in the Uganda premier league.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira eyo yawangula emizannyo amakumi abiri egy'omuddiringaanwa mu liigi ya Uganda eya pulimiya." }, { "english": "Our basketball team is expected to win the remaining games.", "luganda": "Ttiimu yaffe ey'omupiira gw'ensero esuubirwa okuwangula emizannyo egisigaddeyo." }, { "english": "The football team was fined two million Ugandan shillings because of indiscipline.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira yatanzibwa obukadde bubiri obw'ensimbi za Uganda olw'okweyisa obubi." }, { "english": "That referee was given money to determine the result of the game.", "luganda": "Omusazi w'omupiira oyo yaweebwa ssente asalewo ebinaava mu muzannyo." }, { "english": "The referees should be neutral when officiating sports games.", "luganda": "Badiifiri tebalina kwekubiira nga basala emizannyo." }, { "english": "My brother missed a penalty in the last minute of the football match.", "luganda": "Muganda wange yalemererwa okuteeba pena mu ddakiika esembayo mu muzannyo gw'omupiira." }, { "english": "They have the tallest player in the basketball league.", "luganda": "Balina omuzannyi asingayo obuwanvu mu liigi y'omupiira gw'ensero." }, { "english": "That basketball team is owned by the vice president.", "luganda": "Ttiimu eyo ey'omupiira gw'ensero ya mummyuka wa pulezidenti." }, { "english": "Our volleyball team was expelled from the competition for bribing referees.", "luganda": "Ttiimu yaffe ya voole yaggibwa mu lwokaano olw'okugulirira badiifiri." }, { "english": "My brother is the most followed football player on social media.", "luganda": "Muganda wange ye muzannyi w'omupiira asinga okuba n'abagoberezi abangi mu mikuttu emigattabantu." }, { "english": "My uncle is the most paid basketball player in the world.", "luganda": "Kojja wange ye muzannya w'omupiira gw'ensero asingayo okusasulwa ssente ennyingi mu nsi yonna." }, { "english": "The government established mobile clinics to treat coronavirus patients.", "luganda": "Gavumenti yassaawo obulwaliro obutambula okusobola okujjanjaba abalwadde b'ekirwadde kya korona." }, { "english": "My parents have been married for twenty years.", "luganda": "Bazadde bange bamaze emyaka amakumi abiri nga bafumbo." }, { "english": "Who gave you that name?", "luganda": "Ani yakuwa erinnya eryo?" }, { "english": "All schools were closed because of the coronavirus.", "luganda": "Amasomero gonna gaaggalwawo olw'ekirwadde kya korona." }, { "english": "The president imposed a lockdown to prevent the further spread of coronavirus.", "luganda": "Pulezidenti yassaawo omuggalo okusobola okutangira okusaasaana kw'ekirwadde kya korona." }, { "english": "Kitgum district is found in the northern part of Uganda.", "luganda": "Disitulikiti y'e Kitgumu esangibwa mu Bukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "The government advocates for Universe Primary Education.", "luganda": "Gavumenti eyagala abaana ba pulayimale bonna mu ggwanga basome." }, { "english": "In Uganda a primary student has to sit for Primary Living Examinations in order to join secondary school.", "luganda": "Mu Uganda omuyizi wa pulayimale alina okutuula ebigezo by'ekibiina ky'eky'omusanvu okusobola okuyingira mu siniya." }, { "english": "Curfew starts at nine o'clock in the evening.", "luganda": "Kafiyu etandika ku ssaawa ssatu ez'ekiro." }, { "english": "Parents take their children to school when they are still infants.", "luganda": "Abazadde batwala abaana baabwe mu masomero nga bakyali bawere." }, { "english": "In June the civil war intensified and spread through the city.", "luganda": "Mu Jjuuni olutalo olw'omunda lwannyinnyittira ne lusaasaanira ekibuga kyonna." }, { "english": "Most schools are offering online classes to their students.", "luganda": "Amasomero agasinga obungi gayigiriza abayizi okuyitira ku yintaneeti." }, { "english": "She has a medical certificate.", "luganda": "Alina ebbaluwa emukkiriza okukola obusawo." }, { "english": "The candidates sat for their final exams after the uplifting of lockdown.", "luganda": "Abayizi abali mu bibiina eby'akamalirizo baatuula ebigezo byabwe omuggalo bwe gwagibwawo." }, { "english": "The mudslide victims were relocated to the nearby districts.", "luganda": "Abo abaakosebwa okubumbulukuka kw'etaka baatwalibwa mu disitulikiti eziriraanyewo." }, { "english": "There are both government and privately owned universities.", "luganda": "Waliwo yunivasite eza gavumenti n'ez'obwannanyini." }, { "english": "The rebels caused a war in the northern part of Uganda.", "luganda": "Abayeera baaleetawo olutalo mu bitundu by'ebukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "Some people entirely depend on farming as a source of income.", "luganda": "Abantu abamu beesigamye ku bya kulima na kulunda byokka era nga mwe baggya ssente." }, { "english": "Nursery schools have been closed for two and half years because of coronavirus.", "luganda": "Amasomero ga nasale gamaze emyaka ebiri n'ekitundu nga gaggaddwawo olw'ekirwadde kya korona." }, { "english": "The president thanked the health workers who were at the frontline during the pandemic.", "luganda": "Pulesidenti yeebaza abasawo abali ku mwanjo ennyo mu lutalo lw'okulwanyisa ekirwadde." }, { "english": "How do you spend your free time?", "luganda": "Kiki ky'okola mu biseera byo eby'eddembe?" }, { "english": "The dates for the final exams have been communicated.", "luganda": "Bategezeddwa ennaku z'omwezi ebigezo eby'akamalirizo lwe binaakolebwa." }, { "english": "The schools are still under closure till further notice from the president.", "luganda": "Amasomero gakyali maggale okutuusa pulezidenti lw'anaabaako ky'ayogera." }, { "english": "Uganda is hosting refugees from Afghanistan.", "luganda": "Uganda ebuddamizza abanoonyi b'obubudamo okuva mu Afgahanistan." }, { "english": "The parents pay school fees per term.", "luganda": "Abazadde basasula ebisale eby'essomero buli taamu." }, { "english": "Most schools offer both science and arts subjects at the Advanced level.", "luganda": "Amasomero agasinga obungi gayigiriza amasomo ga sayansi n'agatali ga sayansi mu bibiina ebya waggulu." }, { "english": "The task force used the covid relief fund to buy food for vulnerable people.", "luganda": "Abo abaali bavunaanyizibwa ku bikwata ku kirwadde kya korona baakozesa ssente ez'obuyambi ezaaweebwayo okugulira emmere abantu abateesobola." }, { "english": "The examination board is responsible for setting final exams for candidate classes.", "luganda": "Ekitongole ekikola ku bigezo kirina obuvunaanyizibwa okutegeka ebigezo ebikolebwa abali mu bibiina eby'akamalirizo." }, { "english": "In Uganda the teachers are being vaccinated against coronavirus.", "luganda": "Abasomesa mu Uganda bagemebwa ekirwadde kya korona." }, { "english": "What did you do in order to excel?", "luganda": "Kiki kye wakola okusobola okutuuka ku ntikko?" }, { "english": "In Uganda most sugar cane plantations are owned by individuals.", "luganda": "Mu Uganda amasamba g'ebikajo agasinga obungi ga bantu kinnoomu." }, { "english": "The government is encouraging youths to acquire technical skills.", "luganda": "Gavumenti ekubiriza abavubuka okusomerera omulimu ogw'omu mutwe." }, { "english": "How can I start my own business?", "luganda": "Nnyinza ntya okwetandikirawo bizineensi eyange?" }, { "english": "Many of the graduates are unemployed.", "luganda": "Bangi ku abo abaamaliriza emisomo gyabwe tebalina mirimu." }, { "english": "The university administration is investigating the cause of the students' strike.", "luganda": "Abakulira yunivasite banoonyereza ekyaviiriddeko abayizi okwekalakaasa." }, { "english": "Most employees earn monthly salaries.", "luganda": "Abakozi abasinga obungi bafuna omusaala ogwa buli mwezi." }, { "english": "What is required to register a company in Uganda?", "luganda": "Kiki ekyetaagisa okusobola okuwandiisa kampuni mu Uganda?" }, { "english": "The tuition fees vary across the different educational institutions.", "luganda": "Ebisale ebisasulwa ku masomero byawukana okusinziira ku buli kika ky'essomero." }, { "english": "Some medical officers succumbed to coronavirus.", "luganda": "Abasawo abamu baafa ekirwadde kya korona." }, { "english": "I used my savings to buy a plot of land.", "luganda": "Nnakozesa ssente ze nnaterekanga okugula poloti y'ettaka." }, { "english": "Bank of Uganda regulates commercial banks.", "luganda": "Bbanka enkulu eya Uganda y'erabirira bbanka endala zonna mu Uganda." }, { "english": "Some employees were laid off from their jobs because of the pandemic.", "luganda": "Abakozi abamu baayimirizibwa ku mirimu gyabwe olw'ekirwadde." }, { "english": "The interviewer asked me about my future plans.", "luganda": "Abaali bambuuza ebibuuzo baambuuza ebikwata ku nteekateeka zange ez'ebiseera eby'omu maaso." }, { "english": "What are the causes of infertility among married couples?", "luganda": "Kiki ekiviirako abafumbo obutazaala?" }, { "english": "Women are allowed to participate in politics.", "luganda": "Abakazi bakkirizibwa okwenyigira mu by'obufuzi." }, { "english": "There are organizations that advocate for women's rights.", "luganda": "Waliwo ebibiina ebirwanirira eddembe ly'abakazi." }, { "english": "The Ministry of Health provides health services to the people in rural areas through health centers.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulamu kituusa obujjanjabi ku bantu mu byalo okuyitira mu bulwaliro obw'omu byalo." }, { "english": "The Uganda blood bank encourages people to donate blood.", "luganda": "Ab'etterekero ly'omusaayi mu Uganda bakubiriza abantu okugaba omusaayi." }, { "english": "Most private hospitals employ specialized doctors.", "luganda": "Amalwaliro ag'obwannanyini agasinga obungi gakozesa abasawo abakugu." }, { "english": "There are some organizations that offer voluntary services.", "luganda": "Waliwo ebibiina ebimu ebikolera obwereere." }, { "english": "The courts have many cases to handle.", "luganda": "Kkooti erina emisango mingi egy'okukolako." }, { "english": "World Health Organization is responsible for international public health.", "luganda": "Ekitongole ekikola ku by'obulamu mu nsi yonna kivunaanyizibwa ku mbeera y'obulamu bw'abantu bonna mu nsi." }, { "english": "The professionals are registered under certain bodies.", "luganda": "Waliwo ekibiina abakugu bonna gye beewandiisa." }, { "english": "Do you believe in God?", "luganda": "Okkiririza mu Katonda?" }, { "english": "Some of the Non-Governmental Organizations receive funds from international organizations.", "luganda": "Ebibiina by'obwannakyewa ebimu bifuna ssente okuva mu bibiina eby'ensi yonna." }, { "english": "The foundation of marriage should be love.", "luganda": "Omusingi gw'obufumbo kwe kwagala." }, { "english": "Women empowerment advocates for gender equality.", "luganda": "Abo abalwanirira eddembe ly'abakazi baagala wabeewo omwenkanonkano." }, { "english": "International companies employ people from different countries.", "luganda": "Kampuni ez'ensi yonna zikozesa abantu okuva mu nsi ez'enjawulo." }, { "english": "The court trial is expected to continue for three months.", "luganda": "Okuwozesebwa mu kkooti kusuubirwa okweyongera mu maaso okumala emyezi essatu." }, { "english": "The manager is responsible for the day-to-day management of the company.", "luganda": "Maneja aba n'obuvunaanyizibwa ku ebyo ebikolebwa buli lunaku mu kampuni." }, { "english": "People change from one job to another for better payments.", "luganda": "Abantu bakyusa emirimu okuva ku gumu okudda ku mulala okusobola okufuna omusaala ogusingawo obulungi." }, { "english": "New industrial parks are established within the country.", "luganda": "Ebigangirizi by'amakolero ebipya bitandikiddwawo mu ggwanga." }, { "english": "The prisoners are always brought to court for trials.", "luganda": "Abasibe batera okuleetebwa mu kkooti okuwozesebwa." }, { "english": "Some children with disabilities are rejected and abandoned by their relatives.", "luganda": "Abaana abamu abaliko obulemu baboolebwa era ne baabulirwa ab'engaanda zaabwe." }, { "english": "There has been an increase in the number of divorce cases.", "luganda": "Wabaddewo okweyongerayongera mu bungi bw'abo abagattululwa mu bufumbo." }, { "english": "The dish fell on the floor and broke.", "luganda": "Entamu yaggwa wansi n'eyatika." }, { "english": "I woke up with a slight headache.", "luganda": "Nnazuukuse ng'omutwe gunuumamu." }, { "english": "Fever is one of the symptoms of coronavirus.", "luganda": "Omusajja gwe gumu ku bubonero bw'ekirwadde kya korona." }, { "english": "Each hospital owns an ambulance to transport ill patients to referral hospitals.", "luganda": "Buli ddwaliro lirina ambyulensi etwala abalwadde mu malwaliro amakulu." }, { "english": "I thought he was sick.", "luganda": "Mbadde ndowooza nti mulwadde." }, { "english": "Some companies employ on a contract basis.", "luganda": "Amakampuni agamu gakozesa abakozi ku kontulakiti." }, { "english": "Uganda imposed travel bans on countries that were highly hit by the virus.", "luganda": "Uganda yakugira abantu okugenda mu nsi ezaakosebwa ennyo ekirwadde kya korona." }, { "english": "Marketing involves the use of persuasive language to convince consumers to buy your products.", "luganda": "Okutunda eby'amaguzi kizingiramu okukozesa olulimi olumatiza bakasitoma basobole okugula eby'amaguzi." }, { "english": "Our parents got married at a young age.", "luganda": "Bazadde baffe baafumbiriganwa nga bakyali bato." }, { "english": "There is an increase in violence against women and children in the country.", "luganda": "Ebikolwa eby'obukambwe eri abakazi n'abaana bweyongedde nnyo mu ggwanga." }, { "english": "There has been an increase in the number of cancer patients.", "luganda": "Waliwo okweyongera yongera mu bungi bw'abantu abakwatibwa ekirwadde kya kookolo." }, { "english": "The doctor refused to discharge her because she has not yet fully recovered.", "luganda": "Dokita yagaanye okumusiibula kubanga tannawona bulungi." }, { "english": "Some patients are flown out of the country for further treatment because of inadequate medical facilities.", "luganda": "Abalwadde abamu batwalibwa mu nsi endala basobole okweyongera okufuna obujjanjabi olw'okuba wano tewaliiwo bujjanjabi bumala." }, { "english": "Cancer affects different parts of the body.", "luganda": "Ekirwadde kya kookola kikwata ebitundu ebitali bimu mu mubiri." }, { "english": "She never got over the shock of the tragic accident.", "luganda": "Akyafuna okwekanga olw'akabenje ke yafuna." }, { "english": "The country has few cancer facilities to treat the increasing number of cancer patients.", "luganda": "Eggwanga lirimu amalwaliro matono agajjanjaba ekirwadde kya kookolo agasobola okujjanjaba abalwadde ba kookolo abeeyongedde obungi." }, { "english": "Child labor has increased within the country.", "luganda": "Abaana abakozesebwa emirimu beeyongedde obungi mu ggwanga." }, { "english": "The government encourages family planning among married couples.", "luganda": "Gavumenti ekubiriza abafumbo okukozesa enkola eky'ekizaalagumba." }, { "english": "Cancer treatment is costly and cannot be afforded by most cancer patients.", "luganda": "Okujjanjaba ekirwadde kya kookolo kyetaagisa ssente nnyingi nnyo ezitasoboka eri abalwadde ba kookola abasinga obungi." }, { "english": "Hospitals have specific visiting hours.", "luganda": "Amalwaliro gassaawo obudde abantu bwe balina okukyalayo." }, { "english": "The baby was crawling around the room on her hands and knees.", "luganda": "Omwana yali ayavulira mu nnyumba." }, { "english": "Some insects transmit diseases.", "luganda": "Ebiwuka ebimu bisaasaanya endwadde." }, { "english": "Curfew starts at seven o'clock in the evening.", "luganda": "Kafiyu atandika ku ssaawa emu ez'akawungeezi." }, { "english": "I bought a new car yesterday.", "luganda": "Jjo nnagula emmotoka empya." }, { "english": "The president closed the churches for more sixty days.", "luganda": "Pulezidenti yaggalawo amasinzizo okumala ennaku endala nkaaga." }, { "english": "Where did you get the permission from?", "luganda": "Olukusa walugye wa?" }, { "english": "Uganda has different religions.", "luganda": "Mu Uganda mulimu eddiini ezitali zimu." }, { "english": "Uganda has a few specialized doctors.", "luganda": "Uganda erimu abasawo abakugu batono." }, { "english": "The tests for Human Immune Virus are free of charge in government hospitals.", "luganda": "Okukebera akawuka akaleetera ekirwadde kya mukenenya kwabwerere mu malwaliro ga gavumenti." }, { "english": "The doctors carry out several tests to determine the patients' illness before the treatment.", "luganda": "Abasawo bakebera ebintu ebitali bimu okusobola okumanya ekiruma omulwadde nga tebannatandika kumujjanjaba." }, { "english": "The police shot the suspect when he pulled out a gun.", "luganda": "Poliisi yakuba amasasi omuntu eyali ateeberezebwa bwe yasowolayo emmundu." }, { "english": "Cancer can be prevented from spreading to the rest of the body through chemotherapy.", "luganda": "Kookolo bwe bamwokya bayinza okumutangira okusaasanira ebitundu by'omubiri ebirala." }, { "english": "God still performs miracles.", "luganda": "Katonda akyakola ebyamagero." }, { "english": "The children are the ones who suffer when their parents divorce.", "luganda": "Abaana be babonaabona bazadde baabwe bwe bagattululwa." }, { "english": "Some Ugandans are employed in foreign countries.", "luganda": "Bannayuganda abamu bakolera mu nsi endala." }, { "english": "There is freedom of worship in Uganda.", "luganda": "Mu Uganda mulimu eddembe ly'okusinza." }, { "english": "Feathers help to keep birds warm.", "luganda": "Ebyoya biyamba ebinnyonyi okufuna ebbugumu." }, { "english": "My uncle removed his first son from the will because of his bad behavior.", "luganda": "Kojja wange yasazaamu mu kiraamo kye mutabani we omubereberye olw'enneeyisa ye embi." }, { "english": "Every morning we are woken up by the sound of the crowing rooster.", "luganda": "Buli ku makya enkoko ekkokolima y'etuzuukusa." }, { "english": "He inherited his late father's property.", "luganda": "Yasikira ebintu bya kitaawe eyafa." }, { "english": "Roosters are essential in the poultry farm.", "luganda": "Enkoko empanga ziba za mugaso nnyo mu faamu." }, { "english": "He was sick of malaria.", "luganda": "Yali alwadde omusujja gw'ensiri." }, { "english": "I went to see the doctor because I was feeling weak.", "luganda": "Nnagenda okulaba omusawo kubanga nnali mpulira nga sirina maanyi." }, { "english": "The cow was slaughtered on Christmas.", "luganda": "Ente yattibwa ku Ssekkukulu." }, { "english": "My father is the richest man in our town.", "luganda": "Kitange ye musajja asingayo obugagga mu tawuni y'ewaffe." }, { "english": "He likes eating chicken.", "luganda": "Ayagala nnyo okulya enkoko." }, { "english": "He sent a message to his father for financial help.", "luganda": "Yaweereza kitaawe obubaka amuyambeko mu by'ensimbi." }, { "english": "Her health has drastically improved.", "luganda": "Obulamu bwe bulongoose nnyo." }, { "english": "I feel better after taking a nap.", "luganda": "Mpulira bulungi oluvannyuma lw'okuwujaalamu." }, { "english": "She generously donated the little she could.", "luganda": "Yali musanyufu okuwaayo akatono ke yasobola." }, { "english": "My brother is extremely sick.", "luganda": "Muganda wange mulwadde nnyo." }, { "english": "My father has recovered from coronavirus disease.", "luganda": "Kitange awonye ekirwadde kya korona." }, { "english": "Something unusual happened last night.", "luganda": "Waliwo ekintu ekitali kya bulijjo ekyabaddewo ekiro." }, { "english": "The body generates a lot of heat during cold days.", "luganda": "Omubiri gukola ebbungu lingi mu biseera by'obunyogovu." }, { "english": "Our eyes play an important role in keeping us from danger.", "luganda": "Amaaso gaffe gakola kinene nnyo mu kutuyamba obutagwa mu buzibu." }, { "english": "In the African setting elders are respected.", "luganda": "Mu Afirika abantu abakulu mu myaka bassibwamu ekitiibwa." }, { "english": "It was unfair for the boss to give large bonuses to the employees he favors.", "luganda": "Tekyali kya bwenkanya mukama waffe okuwa ssente nnyingi eza boonasi eri abakozi b'ayagala." }, { "english": "He was selfish to everyone around him.", "luganda": "Yali tayagaliza buli muntu yenna." }, { "english": "Forgive me for leaving some of your questions unanswered.", "luganda": "Nsonyiwa olw'obutaddamu ebimu ku bibuuzo byo." }, { "english": "Her brother owns a phone accessories shop.", "luganda": "Muganda we alina edduuka eritunda eby'amassimu." }, { "english": "There is no cure for that disease.", "luganda": "Obulwadde obwo tebuliiko ddalagala." }, { "english": "Some pregnant women spit a lot.", "luganda": "Abakazi abamu ab'embuto bafujja fujja nnyo." }, { "english": "It is irritating to spit in public.", "luganda": "Okufujja mu bantu kiyisa bubi abalala." }, { "english": "He had to decide on the next move to survive.", "luganda": "Yalina okubaako ky'asalawo okukola okusobola okuwonawo." }, { "english": "Illustrations used in the children's books attract them to read the stories in there.", "luganda": "Ebifaananyi ebiba mu bitabo by'abaana bibasikiriza okusoma ebitabo ebyo." }, { "english": "When we were young our parents used to tell us folktales.", "luganda": "Bwe twali abato bazadde baffe batugereranga engero." }, { "english": "She communicated to the people in charge.", "luganda": "Yagamba abantu abaali bakivunaanyizibwako." }, { "english": "I think I left my umbrella in your car.", "luganda": "Ndowooza mmanvuuli yange nnagireka mu mmotoka yo." }, { "english": "Bees make honey.", "luganda": "Enjuki zikola omubisi." }, { "english": "Bees have two pairs of wings.", "luganda": "Enjuki ziba ne peeya bbiri ez'ebiwaawaatiro." }, { "english": "He won the dancing competition.", "luganda": "Yawangula empaka z'okuzina." }, { "english": "Flowers are used for decoration on different occasions.", "luganda": "Ebimuli bikozesebwa mu kuttimba ku mikolo egitali gimu." }, { "english": "Eating a lot of ice cream is not good for your health.", "luganda": "Si kirungi eri obulamu bwo okulya ice cream mungi." }, { "english": "She was tired and fell asleep during the lectures.", "luganda": "Yali akooye era ne yeebakira mu kibiina." }, { "english": "Few people know sign language in Uganda.", "luganda": "Bantu batono nnyo mu Uganda abamanyi olulimi lwa bakiggala." }, { "english": "We sat around the fire singing songs at night.", "luganda": "Ekiro twatuula nga twetooloodde ekyoto ky'omuliro nga tuyimba." }, { "english": "I cooked dinner for the first time after school.", "luganda": "Gwe mulundi gwange ogwasooka okufumba ekyeggulo oluvannyuma lw'okuva ku ssomero." }, { "english": "She had to find a way to get warmth for her baby because it was cold.", "luganda": "Yalina okusala amagezi okulaba nti omwana we abuguma kubanga obudde bwali bunyogoga nnyo." }, { "english": "Light helps us to see well in the night.", "luganda": "Ekitangaala kituyamba okulaba obulungi ekiro." }, { "english": "What a wonderful day this is?", "luganda": "Olunaku luno nga lulungi nnyo?" }, { "english": "In the past the president was a powerful politician.", "luganda": "Mu biseera eby'edda pulezidenti yalinga munnabyabufuzi wa maanyi nnyo." }, { "english": "She is creative in her business.", "luganda": "Mutetenkanya nnyo mu bizineensi ye." }, { "english": "The lion has the strongest roar in the cat family.", "luganda": "Mu bisolo byonna ebiri mu kikula kya kappa empologona y'esinga okuwuluguma." }, { "english": "She caught a big fish.", "luganda": "Yavuba ekyennyanja ekinene." }, { "english": "She looked with confidence during her job interview.", "luganda": "Yali alabika nga yeekkakasa ku yintaviyu y'omulimu." }, { "english": "When the lion roars other animals become frightened.", "luganda": "Empologona bw'ewuluguma ebisolo ebirala bitya." }, { "english": "He was trapped in a difficult situation.", "luganda": "Yeesanga mu mbeera enzibu ennyo." }, { "english": "It rains all year round.", "luganda": "Enkuba ettonya omwaka gwonna." }, { "english": "The patient developed severe neck pain.", "luganda": "Omulwadde yafuna obulumi bwa maanyi nnyo ku nsingo." }, { "english": "She gave up her job at the bank to do farming.", "luganda": "Yalekulira omulimu gwe mu banka asobole okukola ogw'okulima n'okulunda." }, { "english": "In the past women were not allowed to own property.", "luganda": "Mu biseera ebyayita abakyala baali tebakkirizibwa kuba na bintu byabwe ku bwabwe." }, { "english": "My husband came back home thirsty and hungry.", "luganda": "Omwami wange yakomawo ekka ng'ennyonta emuluma era nga n'enjala emuluma." }, { "english": "The patient became weaker day by day.", "luganda": "Omulwadde yeeyongera okunafuwa buli lunaku." }, { "english": "Thousands of people died of hunger in that country.", "luganda": "Enkumi n'enkumi z'abantu baafa enjala mu nsi eyo." }, { "english": "I heard from the news that one of the army generals was dead.", "luganda": "Nnakiwulirira mu mawulire nti omu ku bajenero yali afudde." }, { "english": "Children are advised to listen attentively to their parent's advice.", "luganda": "Abaana bakubirizibwa okuwuliriza n'obwegendereza amagezi agabaweebwa bazadde baabwe." }, { "english": "He wanted to have a good job before having a family.", "luganda": "Yali ayagala kufuna omulimu omulungi nga tannawasa na kuzaala." }, { "english": "Young children like playing a lot.", "luganda": "Abaana abato baagala nnyo okuzannya." }, { "english": "He helped his daughter with her homework.", "luganda": "Yayamba muwalawe okukola homuwaaka." }, { "english": "She was pleased by the work he did.", "luganda": "Yasanyukira nnyo omulimu gwe yakola." }, { "english": "I have never been to Kenya.", "luganda": "Sigendangako Kenya." }, { "english": "She was cruel to the customers.", "luganda": "Yakambwalira bakasitoma." }, { "english": "We ate breakfast at seven o'clock in the morning.", "luganda": "Eky'enkya twakiridde ku ssaawa emu ku makya." }, { "english": "I promise you that I will finish the assignment on time.", "luganda": "Nkusuubiza nti omulimu njakugumalira mu kiseera." }, { "english": "He has been a loyal friend for many years.", "luganda": "Abadde wa mukwano omwesigwa okumala emyaka mingi." }, { "english": "I am sorry for I was rude to you yesterday.", "luganda": "Nsonyiwa olw'okukukambwalira jjo." }, { "english": "You have to be a good observer to see everything.", "luganda": "Olina okwekkaliriza obulungi okusobola okulaba buli kimu." }, { "english": "She was released from jail last week.", "luganda": "Yasumululwa okuva mu kkomera wiiki ewedde." }, { "english": "Who is your new friend?", "luganda": "Ani mukwano gwo omupya?" }, { "english": "He saves half of his monthly salary.", "luganda": "Aterekako kimu kya kubiri eky'omusaala gwe ogwa buli mwezi." }, { "english": "It is a must to tighten your seat belt when you board a plane.", "luganda": "Oteekwa buteekwa okunyweza omusipi gwo ogw'oku ntebe ng'oli mu nnyonyi." }, { "english": "She performed well in the dancing competition.", "luganda": "Yakola bulungi mu mpaka z'amazina." }, { "english": "Some people think rich people are always happy.", "luganda": "Abantu abamu balowooza nti abagagga buli kiseera baba basanyufu." }, { "english": "He runs the family business on his own.", "luganda": "Bizineensi y'amaka agiddukanya bw'omu." }, { "english": "He was very weak after the surgery.", "luganda": "Yagonda nnyo oluvannyuma lw'okumulongoosa." }, { "english": "He attended the seminar when he was hungry.", "luganda": "Ku musomo yaliko ng'enjala emuluma." }, { "english": "Children dirtied themselves with mud.", "luganda": "Abaana beekyafuwaza n'ebitoosi." }, { "english": "Don't chew with your mouth open.", "luganda": "Togaaya mmere ng'oyasamizza akamwa." }, { "english": "My daughter created new friends at our neighbor's birthday party", "luganda": "Muwala wange yafuna emikwano emipya ku mukolo gw'amazaalibwa ewa muliraanwa waffe." }, { "english": "He was caught cheating in the examination.", "luganda": "Yakwatibwa ng'abba ebigezo." }, { "english": "He was hunted by the police after committing murder.", "luganda": "Yanoonyezebwa poliisi oluvannyuma lw'okutemula omuntu." }, { "english": "Children were shocked by the sudden death of their teacher.", "luganda": "Abaana beekanga nnyo omusomesa waabwe bwe yafa ekibwattukira." }, { "english": "She starved to death because nothing was there to eat.", "luganda": "Enjala yamuluma okutuusa lwe yafa kubanga tewaaliwo kya kulya." }, { "english": "Our netball team is not strong enough to win the game.", "luganda": "Ttiimu yaffe ey'omupiira ogw'okubaka si ya maanyi era tesobola kuwangula muzannyo ogwo." }, { "english": "Make sure you brush your teeth.", "luganda": "Kakasa nti osenya emannyo go." }, { "english": "I supported myself throughout the University.", "luganda": "Nneetuusangako buli kye nnali nneetaaga okutuusa lwe nnamalako yunivasite." }, { "english": "The machines in the coffee factory were operating at a high speed.", "luganda": "Ebyuma ebiri mu kyuma ky'emmyanyi byali biddukira ku sipiidi ya waggulu nnyo." }, { "english": "She didn't have the fighting skills to protect her family from danger.", "luganda": "Teyalina bumanyirivu mu kulwana okusobola okukuuma ab'omu maka ge obutatuusibwako kabi." }, { "english": "I agree with the settlement terms in this country.", "luganda": "Nzikkiriziganya n'obukwakulizo obw'okubeera mu nsi eno." }, { "english": "Children are gifts from God.", "luganda": "Abaana kirabo okuva eri Katonda." }, { "english": "He was the first to present his ideas before others.", "luganda": "Ye yasooka abalala bonna okuwa endowooza ye." }, { "english": "Illegal hunting threatens the survival of the animals.", "luganda": "Okuyigga ebisolo mu ngeri emmenya amateeka kiyinza okuviirako okusanyaawo ebisobolo." }, { "english": "The food he ate was so tasty.", "luganda": "Emmere gye yalya yali ewoma nnyo." }, { "english": "I had a long wait at the airport because of the long queues at the security checkpoints.", "luganda": "Nnalinda okumala ekiseera kiwanfu ku kisaawe ky'ennyonyi olw'ouba ennyiriri zaali mpanvu we baali bakeberera abantu." }, { "english": "She was able to trap her boss into admitting that she was underpaid.", "luganda": "Yasobola okuleetera mukama we okukikkiriza nti yali asasulwa ssente ntono nnyo." }, { "english": "I wanted to do that job.", "luganda": "Nnabadde njagala kukola omulimu ogwo." }, { "english": "Our school head prefect is an inspirational leader.", "luganda": "Akulira ba pulifekiti bonna ku ssomero lyaffe mukulembeze mulungi nnyo." }, { "english": "With confidence he said that God saved his life.", "luganda": "Yakyogera talina kubuusabuusa kwonna nti Katonda yalokola obulamu bwe." }, { "english": "Parents want their children to have better lives than them.", "luganda": "Abazadde baagala abaana baabwe babe n'obulamu obulungi okubasinga." }, { "english": "The coronavirus pandemic has changed people's lives.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kikyusizza obulamu bw'abantu" }, { "english": "I saved your life.", "luganda": "Nnawonyaawo obulamu bwo." }, { "english": "She is staying with that man for her children's sake.", "luganda": "Abeera n'omusajja ku lw'abaana be." }, { "english": "May your marriage be blessed with joy peace and love.", "luganda": "Obufumbo bwo ka bubeeremu essanyu emirembe n'okwagala." }, { "english": "I would like to be married in church.", "luganda": "Nnandyagadde okugattibwa mu kkanisa." }, { "english": "After his father's death he became the head of the family.", "luganda": "Oluvannyuma lw'okufa kwa kitaawe ye yafuuka omutwe gw'amaka." }, { "english": "Many people in Bududa were left homeless as a result of the earthquake.", "luganda": "Abantu bangi mu Bududa amaka gaabwe gaasanyizibwawo musisi." }, { "english": "Some youth spend most of their time on social media.", "luganda": "Abavubuka abamu obudde bwabwe obusinga babumalira ku mikuttu emigattabantu." }, { "english": "Parents need to counsel their children not to engage themselves in bad behavior.", "luganda": "Abazadde balina okubuulirira abaana baabwe baleme kwenyigira mu bikolwa ebibi." }, { "english": "He donated boxes of soap to the orphanage home.", "luganda": "Yawa amaka ga bamulekwa bokisi za ssabbuni." }, { "english": "Some teenage girls in villages cannot afford to buy sanitary pads.", "luganda": "Abawala abamu mu byalo tebalina busobozi bwa kugula paadi." }, { "english": "The organization is sponsoring students who are good at any sports activity.", "luganda": "Ekibiina kiyamba abayizi abasobola okuzannya omuzannyo gwonna." }, { "english": "My daughter is learning how to plait hair.", "luganda": "Muwala wange ayiga kusiba nviiri." }, { "english": "She is concerned about his brother's mental health.", "luganda": "Mweraliikirivu ku bikwata ku bulwadde bwa muganda we obw'obwongo." }, { "english": "He sent his son to collect money from the tenants.", "luganda": "Yatuma mutabani we okusolooza ssente ku bapangisa." }, { "english": "She donates a lot of money for charity.", "luganda": "Awaayo ssente nnyingi nnyo eri ebibiina by'obwannakyewa." }, { "english": "Your business has expanded greatly over the last year.", "luganda": "Bizineensi yo egaziye nnyo mu mwaka gumu oguyise." }, { "english": "Marriage requires both partners to be patient with each other.", "luganda": "Mu bufumbo bombi omusajja n'omukazi balina okugumiikirizigana." }, { "english": "Eating certain foods may help reduce the risk of cancer.", "luganda": "Waliwo ekikka ky'emmere omuntu gy'ayinza okulya ne kimuyamba obutakwatibwa kirwadde kya kookolo." }, { "english": "We need to dedicate some time to commune with God.", "luganda": "Tulina okuwaayo ku budde okwogera ne Katonda." }, { "english": "He is so passionate about fashion and fitness.", "luganda": "Ayagala nnyo eby'emisono n'okuba omulamu obulungi." }, { "english": "Every person must have an architectural plan before they begin to construct.", "luganda": "Buli muntu alina okuba ne pulaani y'ennyumba nga tannatandika kuzimba." }, { "english": "Please give me something to eat.", "luganda": "Nkusaba ompe ku ky'okulya." }, { "english": "Trees play an important role in climate change reduction.", "luganda": "Emiti gikola kinene nnyo mu kukendeeza ku nkyukakyuka y'obudde." }, { "english": "You have to make a choice.", "luganda": "Olina okusalawo." }, { "english": "She is pursuing a degree in fashion and design.", "luganda": "Ayagala kufuna diiguli mu by'emisono." }, { "english": "I want to tell you the reasons why I dropped out of school.", "luganda": "Njagala nkubuulire ensonga lwaki nnawanduka mu kusoma." }, { "english": "He encouraged people to plant trees in their compounds.", "luganda": "Yakubiriza abantu okusimba emiti awaka." }, { "english": "When a mango tree reaches maturity it produces mangoes.", "luganda": "Omuti gw'omuyembe bwe gukula gussaako emiyembe." }, { "english": "Flowers make the compound look more beautiful.", "luganda": "Ebimuli birabisa bulungi awaka." }, { "english": "My cousin is a photographer.", "luganda": "Kizibwe wange mukubi wa bifaananyi." }, { "english": "There are beautiful flowers in my garden.", "luganda": "Mu nnimiro yange mulimu ebmmuli ebifaanana obulungi." }, { "english": "There are valuable species of trees in that forest.", "luganda": "Mu kibira ekyo mulimu ebikka by'emiti egy'omuwendo ennyo." }, { "english": "Trees help in preventing flooding and soil erosion.", "luganda": "Emiti giyamba mu kutangira amataba ne mukoka." }, { "english": "Saving will enable you to accumulate money for future investments.", "luganda": "Okubaako ssente z'oterekawo kijja kukuyamba okuweza ssente z'onookolamu ekintu mu biseera eby'omu maaso." }, { "english": "Do not cut down the tree that gives you shade.", "luganda": "Totema miti egikuyamba okuba n'ekisiikirize." }, { "english": "He cut off some of the branches from the mango tree.", "luganda": "Yatema amatabi agamu ag'omuti gw'omuyembe." }, { "english": "I advise you to plant pine trees on that piece of land.", "luganda": "Nkuwa amagezi osimbe emiti gya payini ku ttaka eryo." }, { "english": "Trees must be spaced at the time of planting.", "luganda": "Emiti girina okuweebwa amabanga nga gisimbibwa." }, { "english": "Some types of trees can survive in desert areas.", "luganda": "Ebikka by'emiti ebimu biyinza okukulira mu ddungu." }, { "english": "There are many wild animals in this forest.", "luganda": "Mu kibira kino mulimu ebisolo bingi." }, { "english": "He has a garden of flowers in his compound.", "luganda": "Alina ennimiro y'ebimmuli awaka." }, { "english": "The tree in our compound is deciduous.", "luganda": "Omuti oguli awaka waffe gusuula ebikoola." }, { "english": "Some tree leaves are used as medicine.", "luganda": "Ebikoola by'emiti egimu bikozesebwa ng'eddagala." }, { "english": "He is our entertainment minister at school.", "luganda": "Mu ssomero lyaffe akola nga minisita w'eby'okwesanyusaamu." }, { "english": "I must withdraw some money from the bank.", "luganda": "Nteekwa okubaako ssente ze nzigyayo mu bbanka." }, { "english": "Please accept my apologies for not being able to attend your graduation ceremony.", "luganda": "Nkusaba okkirize okwetonda kwange olw'obutasobola kubaawo ku mukolo gwo ogw'amattikira." }, { "english": "Let me show you how to do it.", "luganda": "Ka nkulage engeri y'okukikolamu." }, { "english": "The president's speech was broadcasted on all radio stations yesterday.", "luganda": "Okwogera kwa pulezidenti jjo kwali ku mikuttu gyonna egya leediyo." }, { "english": "She is a comedian.", "luganda": "Ye kazannyirizi." }, { "english": "He joined another television station as a news anchor.", "luganda": "Yeggatta ku ttivi endala ng'omusomi w'amawulire." }, { "english": "The room was painted blue.", "luganda": "Ekisenge kyasiigibwa langi ya bbululu." }, { "english": "People love him because of his generous character.", "luganda": "Abantu bamwagala kubanga mugabi." }, { "english": "Do not say anything that you might regret later on.", "luganda": "Tobaako ky'oyogera ate ky'onnejuusa oluvannyuma." }, { "english": "He had to pay for the school textbook that he lost.", "luganda": "Yalina okusasulira ekitabo ky'essomero kye yabuza." }, { "english": "The student apologized for the delay in handing in her assignment.", "luganda": "Omuyizi yeetonda olw'okulwawo okuwaayo omulimu gwe." }, { "english": "It takes time to build confidence when you are learning a new skill.", "luganda": "Kitwala ekiseera kiwanvu okufuna obumanyirivu bwe wabaawo omulimu gw'oyiga okukola." }, { "english": "She is looking at the stars.", "luganda": "Atunuulira mmunyeenye." }, { "english": "She is talented at playing netball.", "luganda": "Alina ekitone mu kuzannya omupiira gw'okubaka." }, { "english": "He sent me a threatening message.", "luganda": "Yampeereza obubaka obutiisatiisa." }, { "english": "I saw no justice in the court's decision.", "luganda": "Mu kusalawo kwa kkooti ssaalabamu bwenkanya bwonna." }, { "english": "We should stop discriminating people because of their skin color.", "luganda": "Tusaanidde okulekera awo okusosola mu bantu olwa langi yaabwe." }, { "english": "Most black-skinned people think white-skinned people are rich.", "luganda": "Abantu abaddugavu abasinga obungi balowooza nti abantu abeeru bagagga." }, { "english": "The police arrested the gang of boys who murdered that old woman.", "luganda": "Poliisi yakutte ekibiina ky'abavubuka abasse omukazi omukadde oyo." }, { "english": "This place is too cold.", "luganda": "Ekifo kino kinyogovu nnyo." }, { "english": "He did not participate in the discussion.", "luganda": "Teyeenyigira mu kukubaganya birowoozo." }, { "english": "I am listening to music.", "luganda": "Mpuliriza nnyimba." }, { "english": "The three players were racially abused by the supporters after the final match.", "luganda": "Oluvannyuma lw'omuzannyo ogwasembayo abawagizi baavuma abazannyi abasatu olwa langi yaabwe." }, { "english": "This book was published recently.", "luganda": "Ekitabo kino kyakubibwa gyebuvuddeko awo." }, { "english": "The police should have questioned other people about the case.", "luganda": "Poliisi yandibuuzizza ebibuuzo abantu abalala ku bikwata ku musango ogwo." }, { "english": "He has gone to the studio to record a song.", "luganda": "Agenze mu situdiyo okukwata oluyimba lwe." }, { "english": "I got four aggregates in my Primary Leaving Examinations.", "luganda": "Nnafuna obubonero buna mu bigezo byange eby'eky'omusanvu." }, { "english": "Students learn faster in practical lessons.", "luganda": "Abayizi bayiga mangu bwe basoma nga bye basomako babilabirako ddala." }, { "english": "He was succeeded by his youngest son.", "luganda": "Mutabani we asembayo obuto ye yamusikira." }, { "english": "Most men marry at the age of thirty.", "luganda": "Abasajja abasinga obungi bawasiza ku myaka amakumi asatu." }, { "english": "I studied at the best university in Uganda.", "luganda": "Nnasomera mu yunivasite esingayo obulungi mu Uganda." }, { "english": "Our new neighbor is a police officer.", "luganda": "Muliraanwa waffe omupya wa poliisi." }, { "english": "Meat can be preserved by smoking.", "luganda": "Ennyama bw'ekalirirwa eyinza okukuumibwa n'etavunda." }, { "english": "She takes lessons in sewing.", "luganda": "Asoma bya kutunga." }, { "english": "He was attacked by wild animals.", "luganda": "Yalumbibwa ensolo ez'omu nsiko." }, { "english": "The company is hiring people with four years of experience in the profession.", "luganda": "Kampuni eyagala abakozi abalina obumanyirivu bwa myaka ena mu mulimu ogwo." }, { "english": "Everyone aims at earning a stable income.", "luganda": "Buli muntu alina ekiruubirirwa kya kuba n'eby'enfuna ebirungi." }, { "english": "The protesters threw stones at the police during the November protests.", "luganda": "Abeekalakaasi baakasukira abapoliisi amayinja mu kwekalakaasa okwaliwo mu Museenene." }, { "english": "The teacher punished her for speaking vernacular during school hours.", "luganda": "Omusomesa yamubonereza olw'obutayogera lungereza mu biseera by'essomero." }, { "english": "Motorcyclists are not allowed to use the new bridge.", "luganda": "Abavuzi ba pikipiki tebakkirizibwa kuyita ku lutindo olupya." }, { "english": "She died of a heart attack.", "luganda": "Yafa kirwadde kya mutima." }, { "english": "Our Member of Parliament opened up a new hospital in the district.", "luganda": "Omubaka waffe owa palamenti yaggulawo eddwaliro eppya mu disitulikiti yaffe." }, { "english": "The fear of God is the beginning of wisdom.", "luganda": "Mu kutaya Katonda amagezi mwe gatandikira." }, { "english": "Uganda Airlines has four planes.", "luganda": "Uganda airlines erina ennyonyi nnya." }, { "english": "I was surprised to find him at your home.", "luganda": "Nneewuunya nnyo okumusanga ewuwo." }, { "english": "He grabbed the pen from me while I was writing.", "luganda": "Yankwakkulako peeni nga mpandiika." }, { "english": "The police set him free as they could not find enough evidence against him.", "luganda": "Poliisi yamuta olw'okulemererwa okufuna obujulizi obumala obumulumika." }, { "english": "They called off their strike after meeting with the trade minister.", "luganda": "Baakomya okwekalakaasa kwabwe bwe baamala okusisinkana minisita w'eby'obusuubuzi." }, { "english": "I found a young girl riding a motorcycle.", "luganda": "Nnasanga akawala akato nga kavuga pikipiki." }, { "english": "They were involved in an accident while returning from the party.", "luganda": "Baafuna akabenje bwe baali bava ku kabaga." }, { "english": "Gulu university held its graduation ceremony today.", "luganda": "Yunivasite y'e Gulu yabadde n'okuttikira kw'abayizi leero." }, { "english": "They were captured on the security camera breaking into the house.", "luganda": "Kamera y'eby'okwerinda yabakwata nga bamenya okuyingira mu nnyuma eyo." }, { "english": "He built his mother a new house.", "luganda": "Yazimbira maama we ennyumba empya." }, { "english": "She was caught red-handed in a lodge with her friend's husband.", "luganda": "Yakwatibwa lubona mu loogi ne bba wa mukwano gwe." }, { "english": "My sister is good at drawing pictures.", "luganda": "Muganda wange asiiga bulungi ebifaananyi." }, { "english": "He usually plays games on the phone in his free time instead of reading books.", "luganda": "Mu biseera bye eby'eddembe aba azannya buzannyo ku ssimu mu kifo ky'okusoma ebitabo." }, { "english": "Our new teacher is a Kenyan.", "luganda": "Omusomesa waffe omupya Munnakenya." }, { "english": "She lost all her academic documents in the fire.", "luganda": "Omuliro gwasaanyaawo ebiwandiiko bye byonna eby'obuyigirize." }, { "english": "This president has ruled the country since its independence.", "luganda": "Pulezidenti ono afuze eggwanga bukya lifuna bwetwaze." }, { "english": "When the bell rang the students went home.", "luganda": "Ekide bwe kyakubye abayizi baagenze eka." }, { "english": "The students shared their holiday experiences on the first day of the new term.", "luganda": "Ku lunaku olusooka olwa ttaamu empya abayizi baayogera ku bye baayitamu mu luwummula." }, { "english": "What did you do during the last holidays?", "luganda": "Biki bye wakola mu luwummula oluwedde?" }, { "english": "My phone fell into the water.", "luganda": "Essimu yange yagwa mu mazzi." }, { "english": "They always walked to school in a big group.", "luganda": "Baagendanga ku ssomero nga batambulira mu kibinja kinene." }, { "english": "The bridge across the river was destroyed by the heavy rains.", "luganda": "Olutindo olusala omugga enkuba ey'amaanyi yalusaanyaawo." }, { "english": "She stopped studying when she got pregnant.", "luganda": "Yalekera awo okusoma ng'afunye olubuto." }, { "english": "My young brother dipped his hands in hot porridge.", "luganda": "Muganda wange omuto yatadde engalo mu buugi obwokya." }, { "english": "Do you think the teacher will be angry if we miss our classes today?", "luganda": "Olowooza omusomesa anaanyiiga singa tetubaawo mu kibiina leero?" }, { "english": "It is dangerous to ride a bicycle in the rain.", "luganda": "Kya bulabe okuvuga eggaali ng'enkuba ettonya." }, { "english": "He lost the court case.", "luganda": "Baamuwangula mu musango ogwawozesebwa kkooti." }, { "english": "We have delayed reaching because the vehicle got stuck in the mud.", "luganda": "Tuluddewo okutuuka kubanga emmotoka yatubidde mu bisooto." }, { "english": "Our school built a new library.", "luganda": "Essomero lyaffe lyazimbye etterekero ly'ebitabo eppya." }, { "english": "It is important to wear a life jacket when you are on a boat.", "luganda": "Kikulu okwambala jjaketi etaasa obulamu ng'oli mu lyato." }, { "english": "The firefighters saved the young boy who was trapped in the burning house.", "luganda": "Abazikiriza omuliro baataasizza omulenzi omuto eyabadde mu kizimbe ekikutte omuliro." }, { "english": "I would have drowned if the fishermen didn't help me.", "luganda": "Nnandibidde singa abavubi tebannyambye." }, { "english": "There has been an increase in domestic violence cases during this lockdown.", "luganda": "Wabaddewo okweyongera mu bikolwa eby'obukambwe mu maka mu kiseera ky'omuggalo guno." }, { "english": "He had to repeat primary five after performing poorly in the final exams.", "luganda": "Yalina okuddamu ekibiina eky'okutaano olw'okuba yagwa ebibuuzo eby'akamalirizo." }, { "english": "My sister is addicted to her phone.", "luganda": "Muganda wange yeemalira nnyo ku ssimu ye." }, { "english": "His girlfriend comes from northern Uganda.", "luganda": "Muganzi we ava mu bukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "A mad man was knocked by a police car.", "luganda": "Mmotoka ya poliisi yatomedde omusajja omulalu." }, { "english": "The children walked back home together.", "luganda": "Abaana baatambulidde wamu nga baddayo eka." }, { "english": "The rain hit me.", "luganda": "Enkuba yankubye." }, { "english": "His mother was thankful to God for protecting her son.", "luganda": "Maama we yeebaza Katonda olw'okukuuma mutabani we." }, { "english": "It is good to say thank you to God.", "luganda": "Kirungi okwebaza Katonda." }, { "english": "You saved my boy because you knew how to swim.", "luganda": "Wataasizza mutabani wange kubanga wabadde omanyi okuwuga." }, { "english": "His father bought him a new school uniform at the beginning of the term.", "luganda": "Taata we yamugulira yunifoomu empya ku ntandikwa y'olusoma." }, { "english": "Each time I see this picture I remember my father.", "luganda": "Buli lwe ntunuulira ekifaananyi kye nzijukira taata wange." }, { "english": "If the river is flooding don't cross it.", "luganda": "Tosalanga mugga nga gubooze." }, { "english": "The government is constructing a new power dam on that river.", "luganda": "Gavumenti ezimba ebbibiro ly'amasannyalaze eppya ku mugga ogwo." }, { "english": "The boys narrated to the teacher what had happened.", "luganda": "Abalenzi baabuulidde omusomesa ebyabaddewo." }, { "english": "When it started raining the girls took shelter under the mango tree.", "luganda": "Enkuba bwe yatandise okutonnya abawala beggamye wansi w'omuti gw'omuyembe." }, { "english": "He easily gets annoyed.", "luganda": "Anyiiga mangu." }, { "english": "I am sure you have something you can wear for the party.", "luganda": "Nkimanyi olina olugoye lw'osobola okwambala ku kabaga." }, { "english": "The English lesson will begin at midday.", "luganda": "Essomo ly'Olungereza lijja kutandika ku ssaawa mukaaga ez'emisana." }, { "english": "The government created new cities last year.", "luganda": "Gavumenti yateekawo ebibuga ebipya omwaka oguwedde." }, { "english": "He is strong as a horse.", "luganda": "Wa maanyi ng'embalaasi." }, { "english": "She is the only girl in her class.", "luganda": "Ye muwala yekka ali mu kibiina kye." }, { "english": "My uncle works from morning to evening.", "luganda": "Kojja wange akola okuva ku makya okutuuka akawungeezi." }, { "english": "He got a job as a security guard at the bank.", "luganda": "Yafuna omulimu gw'omukuumi ku bbanka." }, { "english": "Some medicines must be taken after eating food.", "luganda": "Eddagala erimu lirina kumiribwa oluvannyuma lw'okulya emmere." }, { "english": "Many girls do not like participating in sports activities.", "luganda": "Abawala bangi tebaagala kwenyigira mu bya mizannyo." }, { "english": "They held a fundraising drive for the construction of a new church.", "luganda": "Baasolooza ssente ez'okuzimba esinzizo eppya." }, { "english": "My brother took the cattle to graze in a nearby field.", "luganda": "Muganda wange yatutte ente okulya omuddo ku ttale eriri okumpi." }, { "english": "They talked about their experiences as mothers.", "luganda": "Baayogedde ku bye bayitamu nga bamaama." }, { "english": "My daughter has outgrown most of her dresses.", "luganda": "Muwala wange engoye ze ezisinga obungi zimuleseewo." }, { "english": "He hurt his knee when he fell.", "luganda": "Yagudde eviivi lye ne likosebwa." }, { "english": "My driving license expired last week.", "luganda": "Layisinsi yange ey'okuvuga emmotoka yaggwaako wiiki ewedde." }, { "english": "Some ladies love wearing artificial nails.", "luganda": "Abakazi abamu baagala okwambala enjala enkolerere." }, { "english": "Some people in our village use donkeys for transport.", "luganda": "Abantu abamu ku kyalo kyaffe bakozesa ndogoyi mu by'entambula." }, { "english": "He did not like the way his boss used to talk about fellow employees.", "luganda": "Teyayagalanga ngeri mukama we gye yayogeranga ku bakozi banne." }, { "english": "He finished the exam before anyone else in the room.", "luganda": "Yamaliriza ekigezo nga banne bonna be yatuula nabo tebannaba." }, { "english": "My parents agreed to contribute to my trip.", "luganda": "Bazadde bange bakkiriza okumpa ssente ez'olugendo lwange." }, { "english": "Everyone desires to live in good conditions.", "luganda": "Buli omu ayagala okuba mu mbeera ennungi." }, { "english": "The doctors threatened to go on strike if their monthly wages are not increased.", "luganda": "Abasawo baagamba nti baali bagenda kwekalakaasa singa omusaala gwabwe ogw'omwezi tegwongezebwa." }, { "english": "The government is constructing a new airport in Hoima district.", "luganda": "Gavumenti ezimba ekisaawe ky'ennyonyi ekipya mu disitulikiti y'e Hoima." }, { "english": "He resigned from his job.", "luganda": "Yalekulidde omulimu." }, { "english": "She hired a driver that will drive his children to and from school.", "luganda": "Yapangisa ddereeva ow'okuvuga abaana be nga bagenda era nga bava ku ssomero." }, { "english": "Most drivers did not go to driving school.", "luganda": "Badereeva abasinga obungi tebaagenda mu masomero agatendeka badereeva." }, { "english": "My school won the inter-school districts competition.", "luganda": "Essomero lyange lyawangula empaka za disitulikiti ez'amasomero." }, { "english": "Many young men spend their time arguing about football.", "luganda": "Abavubuka bangi bamala ebiseera nga bawakana ku by'omupiira." }, { "english": "My company rewards the best performing employees every year.", "luganda": "Buli mwaka kampuni mwe nkolera ewa ebirabo abakozi baayo abasinze okukola obulungi." }, { "english": "He bought an ambulance for the people in his area.", "luganda": "Yagulira abantu b'omu kitundu kye ambyulensi." }, { "english": "The Ethiopian airline is the largest airline in Africa.", "luganda": "Kampuni y'ennyonyi eya Ethiopian airline ye kampuni y'ennyonyi esinga obunene mu Afirika." }, { "english": "He is paid three million Ugandan shillings every month.", "luganda": "Bamusasula obukadde bwa Uganda busatu buli mwaka ." }, { "english": "The luggage was too heavy for her to carry.", "luganda": "Omugugu gwali munene nnyo nga tasobola kugusitula." }, { "english": "Some students are forced to read books.", "luganda": "Abayizi abamu babakaka okusoma ebitabo." }, { "english": "He constructed a walk fence around his home.", "luganda": "Yazimba olukomera okwetooloola ennyumba ye." }, { "english": "She keeps vomiting after eating.", "luganda": "Asesema buli lw'amala okulya." }, { "english": "Her life improved when she got a job.", "luganda": "Obulamu bwe bwalongooka bwe yafuna omulimu." }, { "english": "My children get enough rest during the weekend.", "luganda": "Abaana bange bawummula ekimala ku wiikendi." }, { "english": "He smokes cigarettes every day.", "luganda": "Afuuweta ssigala buli lunaku." }, { "english": "He took his shoes to the cobbler.", "luganda": "Engatto ze yazitwala ew'omutunzi w'engatto." }, { "english": "At school we eat beans and rice for lunch every Sunday.", "luganda": "Ku ssomero buli lwa Ssande tulya bijanjaalo na muceere." }, { "english": "People are not allowed in the taxi park.", "luganda": "Abantu tebakkirizibwa mu paaka ya takisi." }, { "english": "My sister has a bad handwriting.", "luganda": "Muganda wange awandiika bubi." }, { "english": "My cousin is very wise despite her young age.", "luganda": "Omu ku b'enganda zange mugezi nnyo wadde ng'akyali muto." }, { "english": "The girls went to the market to buy clothes.", "luganda": "Abawala baagenze mu katale okugula engoye." }, { "english": "My friend got a job just after her graduation.", "luganda": "Mukwano gwange yafunirawo omulimu oluvannyuma lw'okutikkirwa." }, { "english": "The young girl wanted to follow her sisters to the market.", "luganda": "Omuwala omuto yabadde ayagala okugenda ne baganda be bwe baabadde bagenda mu katale." }, { "english": "She followed her mother to the garden.", "luganda": "Yagoberera maama we mu nnimiro." }, { "english": "My father traveled to Kampala on Sunday.", "luganda": "Taata wange yagenze Kampala ku Ssande." }, { "english": "She broke the television screen.", "luganda": "Yayasizza ekirawuli kya ttivi." }, { "english": "My grandfather was a great mathematician.", "luganda": "Jjajja wange omusajja yali amanyi nnyo okubala." }, { "english": "She escaped from home to attend her friend's party.", "luganda": "Yatolose awaka okugenda ku kabaga ka mukwano gwe." }, { "english": "He lost his school identity card.", "luganda": "Ndagamuntu ye ey'essomero yamubuzeeko." }, { "english": "Our party was disrupted by rain.", "luganda": "Enkuba yagootaanyizza akabaga kaffe." }, { "english": "That old woman is looking for shelter.", "luganda": "Omukazi omukadde anoonya wa kwewogoma." }, { "english": "Their car ran out of fuel before reaching home.", "luganda": "Emmotoka yaabwe yaweddemu amafuta nga tebannatuuka waka." }, { "english": "He hit the snake with a big stick and killed it.", "luganda": "Omusota yagukubisizza omuggo omunene n'agutta." }, { "english": "My brother milks the cows every morning.", "luganda": "Muganda wange akama ente buli ku makya." }, { "english": "My shoes are made from leather.", "luganda": "Engatto zange za ddiba." }, { "english": "Our gatekeeper sleeps during the day so that he can remain awake throughout the night.", "luganda": "Omukuumi waffe yeebaka emisana asobole okusigala ng'atunula ekiro." }, { "english": "She told me to wake her up when the teacher enters the class.", "luganda": "Yangambye okumuzuukusa ng'omusomesa ayingidde ekibiina." }, { "english": "The wind has blown all your clothes off the hanging wire.", "luganda": "Embuyaga ewanudde engoye zo zona ku waya n'ezisuula wansi." }, { "english": "She makes good saddles from cowhide.", "luganda": "Akola ebitebe by'oku mbalaasi ebirungi okuva mu maliba g'ente." }, { "english": "He approached me and asked for my daughter's hand in marriage.", "luganda": "Yantuukirira n'ansaba muwe muwala wange amuwase." }, { "english": "He sang a very beautiful song at my wedding.", "luganda": "Yayimba oluyimba olulungi ennyo ku mbaga yange." }, { "english": "We rushed to the school noticeboard when we heard that our results had been released.", "luganda": "Bwe twawulira nti ebibuuzo byaffe byali bikomyewo twayanguwa ne tugenda okukebera awatimbirwa ebiwandiiko ku ssomero." }, { "english": "He was shot dead because he refused to raise his hands.", "luganda": "Baamukuba amasasi n'afa olw'okuba yagaana okuwanika emikono." }, { "english": "The girl was brave enough to kill a snake.", "luganda": "Omuwala yali muvumu okutta omusota." }, { "english": "The school matron woke up all students and told them to prepare for classes.", "luganda": "Metulooni w'essomero yazuukusa abaana bonna n'abagamba beeteeketeeke okugenda okusoma." }, { "english": "My sister was born deaf.", "luganda": "Muganda wange baamuzaala kiggala." }, { "english": "He took his clothes to the tailor for mending.", "luganda": "Yatwala engoye ze ew'omutunzi okuziddaabiriza." }, { "english": "Tears rolled down her cheek when she heard that her father had died.", "luganda": "Yakulukusa amaziga bwe baamubikira nti taata we afudde." }, { "english": "Your brother ran away from the village with my money.", "luganda": "Muganda wo yadduka ku kyalo n'agenda ne ssente zange." }, { "english": "My wife does not want our children to do house chores.", "luganda": "Mukyala wange tayagala baana baffe kukola mirimu gya waka." }, { "english": "Their father has died in an accident.", "luganda": "Taata waabwe afiiridde mu kabenje." }, { "english": "A tree fell and hit a man.", "luganda": "Omuti gwagwiridde omusajja." }, { "english": "The patient was already dead by the time they arrived at the hospital.", "luganda": "Omulwadde yali amaze okufa we baatuukira ku ddwaliro." }, { "english": "Trees provide us with shade.", "luganda": "Emiti gituwa ekisiikirize." }, { "english": "The boy escaped from school without anyone noticing.", "luganda": "Omulenzi yatoloka ku ssomero nga tewali n'omu ategedde." }, { "english": "Drink water whenever you feel thirsty.", "luganda": "Buli lw'owulira ennyonta nywa amazzi." }, { "english": "He fell into a deep well and drowned.", "luganda": "Yagwa mu luzzi oluwanvu n'afa." }, { "english": "I am the smallest amongst the children in my class.", "luganda": "Mu baana b'omu kibiina kyange nze asingayo obutono." }, { "english": "She wants us to help her in carrying the luggage to the dormitory.", "luganda": "Ayagala tumusitulireko omugugu okugutwala mu kisulo." }, { "english": "No one is going to help you in carrying that bag.", "luganda": "Tewali agenda kukusitulirako nsawo eyo." }, { "english": "She came back from the well with an empty jerrycan.", "luganda": "Yakomawo okuva ku luzzi ng'ekidomola kikalu." }, { "english": "Most of the girls at my school drink alcohol.", "luganda": "Abawala abasinga obungi ku ssomero gye nsomera bannywa omwenge." }, { "english": "He has not left any money for buying food.", "luganda": "Taleseewo ssente za kugula mmere." }, { "english": "The elephant is the largest animal in the world.", "luganda": "Enjovu ye nsolo esingayo obunene mu nsi." }, { "english": "Some students attend lectures when they are drunk.", "luganda": "Abayizi abamu bajja mu kibiina nga batamidde." }, { "english": "Most people drink a lot of alcohol when they feel stressed.", "luganda": "Abantu abasinga bannywa nnyo omwenge nga balina ebibeeraliikiriza." }, { "english": "She lost a lot of blood during delivery.", "luganda": "Yavuddemu omusaayi mungi ng'azaala." }, { "english": "We did not plant any food this season.", "luganda": "Tetwasimba mmere yonna sizoni eno." }, { "english": "The parents announced that their daughter was missing.", "luganda": "Abazadde baalanze nti muwala waabwe abuze." }, { "english": "The police searched everywhere in the country but could not find our daughter.", "luganda": "Poliisi yanoonya buli wamu mu ggwanga naye teyasobola kuzuula muwala waffe." }, { "english": "My brother moved from one office to another in search for a job.", "luganda": "Muganda wange yatalaaga ofiisi ezitali zimu ng'anoonya omulimu." }, { "english": "You look tired you need to rest.", "luganda": "Olabika ng'akooye weetaaga okuwummula." }, { "english": "She cut banana leaves to cover the food.", "luganda": "Yasaze endagala ez'okusaanika emmere." }, { "english": "She thought I did not know how to play cards.", "luganda": "Yali alowooza nti simanyi kuzannya matatu." }, { "english": "We made a mat from papyrus reeds.", "luganda": "Twaluka omukeeka mu bitoogo." }, { "english": "The president may impose another lockdown due to an increase in the number of coronavirus cases.", "luganda": "Pulezidenti ayinza okuzzaawo omuggalo olw'omuwendo gw'abalwadde ba corona ogweyongedde." }, { "english": "We hurried to chase the thief that had stolen a motorcycle from our friend.", "luganda": "Twayanguwa okugoba omubbi eyali abbye pikipiki ya mukwano gwaffe." }, { "english": "The president was welcomed to our village by the Member of Parliament for our constituency and other leaders.", "luganda": "Omubaka wa palamenti ow'ekitundu kyaffe n'abakulembeze abalala be baayanirizza pulezidenti ku kyalo kyaffe." }, { "english": "My suitcase looks heavy but it is very light.", "luganda": "Ssanduuko yange erabika ng'ezitowa naye ewewuka nnyo." }, { "english": "She accidentally swallowed a fish bone while she was eating.", "luganda": "Bwe yabadde alya yamize akagumba k'ekyennyanja nga tagenderedde." }, { "english": "The teacher left the class in anger.", "luganda": "Omusomesa yanyiize n'ava mu kibiina." }, { "english": "The man I am showing you is holding a stick.", "luganda": "Omusajja gwe nkulaga akutte omuggo." }, { "english": "Her aunt took her to the city to work as a maid.", "luganda": "Ssenga we yamutwala mu kibuga kukola bwa yaaya." }, { "english": "The girl that saved other students from the fire died as a hero.", "luganda": "Omuwala eyataasizza banne omuliro yafudde nga muzira." }, { "english": "The president narrated to us a story of the woman who fought for his life.", "luganda": "Pulezidenti yatubuulidde ku mukazi eyalwana okutaasa obulamu bwe." }, { "english": "That man saved me from the men that wanted to rape me.", "luganda": "Omusajja oyo yantaasizza abasajja abaabadde baagala okunkwata." }, { "english": "The students were punished for making noise in class.", "luganda": "Abayizi baababonerezza olw'okuleekaanira mu kibiina." }, { "english": "We shall have the leaders' meeting tomorrow.", "luganda": "Tujja kuba n'olukungaana lw'abakulembeze enkya." }, { "english": "Northern Uganda is a sparsely populated region.", "luganda": "Ebitundu by'omu bukiikakkono bwa Uganda birimu abantu batono nnyo." }, { "english": "She gave an edited version of my speech.", "luganda": "Emboozi yange yagizzeemu ng'agikyusizzaamu katono." }, { "english": "That girl is not her child.", "luganda": "Omuwala oyo si mwana we." }, { "english": "The school management will sit to discuss the decline in the school's academic performance.", "luganda": "Abakulembeze b'essomero bajja kutuula boogere ku nsonga eviiriddeko abayizi okukola obubi." }, { "english": "She has not disclosed the dates when students are to go back to school.", "luganda": "Tayogedde ddi abayizi lwe bannaddamu kusoma." }, { "english": "Your mother is calling you to wash utensils.", "luganda": "Maama wo akuyita oyoze ebintu." }, { "english": "Students need a break of five minutes every after a lesson.", "luganda": "Abayizi beetaaga bawummulemu eddakiika ttaano buli luvannyuma lw'essomo erimu." }, { "english": "My parents told me that they used to study under a tree.", "luganda": "Bazadde bange bangamba nti baasomeranga wansi wa muti." }, { "english": "My uncle spent ten years in prison.", "luganda": "Kojja wange yamala emyaka kkumi mu kkomera." }, { "english": "My sister puts a lot of sugar in tea.", "luganda": "Muganda wange ateeka sukaali mungi mu caayi." }, { "english": "I heard my father talking about going to work in foreign countries.", "luganda": "Nnawulidde taata wange ng'ayogera ku ky'okugenda mu nsi z'ebweru okukola." }, { "english": "I cannot believe that the person I talked to yesterday is dead.", "luganda": "Sikikkiriza nti omuntu gwe nnayogedde naye jjo afudde." }, { "english": "He was arrested after making jokes out of the president's speech.", "luganda": "Yakwatiddwa oluvannyuma lw'okukolera katemba mu bigambo pulezidenti bye yayogedde." }, { "english": "Place the bottles of soda in ice cubes to keep the soda cold.", "luganda": "Teeka amacupa ga sooda mu bbalaafu soda asobole okusigala ng'anyogoga." }, { "english": "I was impressed by your confidence in answering questions.", "luganda": "Nnakwatiddwako nnyo engeri gye wazzeemu ebibuuzo nga weekakasa." }, { "english": "My brother failed to eat his lunch because his tooth was aching.", "luganda": "Muganda wange teyasobodde kulya kyamisana olw'okuba erinnyo lyabadde limuluma." }, { "english": "I got my jacket from the clothes that were brought to the orphanage.", "luganda": "Kooti yange nnagifuna mu ngoye ze baaleeta mu kifo we bakuumira bamulekwa." }, { "english": "So many students buy books from his shop because he gives them sweets.", "luganda": "Abayizi bangi bagula ebitabo mu dduuka lye olw'okuba abawa swiiti." }, { "english": "He has never changed his behavior of talking while eating.", "luganda": "Talekangayo muze gwa kwogera ng'alya." }, { "english": "Your brother does not reply to my messages lately.", "luganda": "Ennaku zino muganda wo takyaddamu messegi zange." }, { "english": "She laughs at me whenever I stammer.", "luganda": "Ansekerera buli lwe nnanaagira." }, { "english": "I clearly remember the way to your home.", "luganda": "Nzijukira bulungi ekkubo erigenda ewammwe." }, { "english": "She gave birth to her fifth child.", "luganda": "Yazadde omwana we ow'okutaano." }, { "english": "She gave us bread.", "luganda": "Yatuwa omugaati." }, { "english": "Whoever attended her wedding was served a piece of cake.", "luganda": "Buli eyaliwo ku mbaga ye yalya keeki." }, { "english": "Everyone ate four slices of bread while taking tea.", "luganda": "Buli omu yalidde emigaati ena ku caayi." }, { "english": "She will not be part of the athletics competitions because she is injured.", "luganda": "Tajja kwetaba mu mpaka z'okudduka olw'okuba alina obuvune." }, { "english": "I do not think my cousin is this greedy.", "luganda": "Sisuubira nti kizibwe wange mukodo nnyo bw'atyo." }, { "english": "He is worried that he may be late for the job interview.", "luganda": "Mweraliikirivu nti ayinza okutuuka ekikeerezi ku yintaviyu y'omulimu." }, { "english": "Few people buy from his shop because it is dirty.", "luganda": "Abantu batono abagula ebintu mu dduuka lye olw'okuba kyafu." }, { "english": "I thought all shops sell sugar at the same price.", "luganda": "Nnali ndowooza nti amaduuka gonna sukaali gamutunda ku bbeeyi y'emu." }, { "english": "I passed the tailor's place to check whether she had finished making my dress.", "luganda": "Nnayiseeko ew'omutunzi okulaba obanga ekiteeteeyi kyange yabadde akimalirizza." }, { "english": "He promised to give us a bonus if we bought from him the next time.", "luganda": "Yatusuubiza okutwongeza singa tumugulako omulundi omulala." }, { "english": "He organized an abrupt birthday party to surprise his young sister.", "luganda": "Yategese akabaga k'amazaalibwa ak'amangu okwewuunyisa muganda we." }, { "english": "Most fruits are eaten raw.", "luganda": "Ebibala ebisinga obungi babirya tebabifumbye." }, { "english": "That type of sugarcane is usually sweet and juicy.", "luganda": "Ekika ky'ekikajjo ekyo kitera okuwooma n'okubaamu supu." }, { "english": "My mother told me to share my birthday cake with my friends.", "luganda": "Maama wange yangambye okugabana ne mikwano gyange keeki yange ey'amazaalibwa." }, { "english": "The girls were happy when their mother excused them from fetching water.", "luganda": "Abawala baasanyuse maama waabwe bwe yabagambye nti tebagenda kukima mazzi." }, { "english": "We should be thankful to the people that pay our school fees.", "luganda": "Tusaanidde okusiima abantu abatusasulira ebisale by'essomero." }, { "english": "My parents share responsibilities at home.", "luganda": "Bazadde bange bagabana obuvunaanyizibwa awaka." }, { "english": "I will bring you your science textbook as soon as I find it.", "luganda": "Nja kukuleetera ekitabo kyo ekya ssaayansi amangu ddala nga nkizudde." }, { "english": "He gave me two apples to share amongst ourselves.", "luganda": "Yampadde apo bbiri tuzigabane." }, { "english": "The hawker sells apples only.", "luganda": "Omutembeeyi atunda apo zokka." }, { "english": "Do your children know how to count money?", "luganda": "Abaana bo bamanyi okubala ssente?" }, { "english": "Some teachers have resorted to informal employment.", "luganda": "Abasomesa abamu basazeewo okukola emirimu egya lejjalejja." }, { "english": "You will use the remaining apples to make juice for lunch.", "luganda": "Apo ezisigaddewo ojja kuzikubamu eby'okunywa bye tunaanywera ku ky'emisana." }, { "english": "Few people received the covid relief funds.", "luganda": "Abantu batono abaafuna ssente ez'okubayamba mu kiseera ky'obulwadde bwa covid." }, { "english": "Give me three reasons why you did not come to school yesterday.", "luganda": "Mpa ensonga ssatu lwaki tewazze ku ssomero jjo." }, { "english": "Many countries are battling with the new wave of coronavirus.", "luganda": "Amawanga mangi galumbiddwa ekika ekipya eky'obulwadde bwa corona." }, { "english": "You can get fresh vegetables from the market.", "luganda": "Osobola okufuna enva endiirwa ennungi mu katale." }, { "english": "The rescue team arrived on time to evacuate the people.", "luganda": "Abaduukirize baatuuse mu budde okutaasa abantu." }, { "english": "Please help me with my luggage.", "luganda": "Nsitulirako omugugu gwange." }, { "english": "May I see your photo?", "luganda": "Ka ndabe ku kifaananyi kyo?" }, { "english": "Do you have any sports channels on your package?", "luganda": "Ku bye wasasulidde olinako omukutu gw'eby'emizannyo gwonna?" }, { "english": "I hurt my leg because I was moving in the dark.", "luganda": "Nnafunye obuvune ku kugulu olw'okuba nnabadde ntambula kiro." }, { "english": "He has many fans around the world.", "luganda": "Alina abawagizi bangi okwetooloola ensi." }, { "english": "The football players have gone on vacation.", "luganda": "Abasambi b'omupiira bagenze mu luwummula." }, { "english": "I saw the look of eagerness on his face.", "luganda": "Nnakirabidde ku maaso ge nti yabadde yeesunga nnyo." }, { "english": "They were ordered to sit on the ground.", "luganda": "Baalagiddwa okutuula wansi." }, { "english": "My only complaint about the house is the wooden floor.", "luganda": "Ekintu kyokka kye saagala ku nnyumba yange kwe kuba nti wansi baateekawo mbaawo." }, { "english": "The police officer helped the children cross the road.", "luganda": "Omupoliisi yayambye abaana okusala oluguudo." }, { "english": "She wants to have a baby boy.", "luganda": "Ayagala kuzaala mwana wa bulenzi." }, { "english": "My mother has gone to see the pastor.", "luganda": "Maama wange agenze kulaba musumba." }, { "english": "He met his real parents when he was sixteen years old.", "luganda": "Bazadde be bennyini yasooka kubalaba nga wa myaka kkumi na mukaaga." }, { "english": "He is afraid of going to the police station.", "luganda": "Atya okugenda ku poliisi." }, { "english": "Her fiancé does not want to meet her family.", "luganda": "Muganzi we tayagala kusisinkana banganda ze." }, { "english": "The family rejoiced when their son was released from prison.", "luganda": "Omwami ne mukyala we baasanyuse mutabani waabwe bwe baamusumuludde okuva mu kkomera." }, { "english": "We do not keep things that are not ours.", "luganda": "Tetukuuma bintu bitali byaffe." }, { "english": "The old furniture is kept in the store.", "luganda": "Ebibajje ebikadde babitereka mu sitoowa." }, { "english": "The leader will be addressing the villagers on Saturday.", "luganda": "Omukulembeze w'ekyalo ajja kwogera eri abantu ku Lwomukaaga." }, { "english": "Who took their wedding photos?", "luganda": "Ani yabakuba ebifaananyi ku mbaga yaabwe?" }, { "english": "What do men do during paternity leave?", "luganda": "Abasajja bakola ki nga babakkirizza okuwummula ku mulimu nga bakyala baabwe bazadde?" }, { "english": "The ultra-scan showed the baby.", "luganda": "Sikaani yalaze omwana ali mu lubuto." }, { "english": "The umbrella does not belong to him.", "luganda": "Manvuuli eyo si yiye." }, { "english": "The doctors could not believe that he was healed.", "luganda": "Abasawo baali tebakikkiriza nti awonye." }, { "english": "Her baby has been discharged.", "luganda": "Omwana we baamusiibudde okuva mu ddwaliro." }, { "english": "His cow has been missing since last week.", "luganda": "Ente ye yabula okuva wiiki ewedde." }, { "english": "He went to the health center because he felt weak.", "luganda": "Yagenda mu ddwaliro olw'okuba yali teyeewulira bulungi." }, { "english": "They are planning a surprise birthday party.", "luganda": "Bateekateeka akabaga k'amazaalibwa nga tamanyi." }, { "english": "Who remembers Kampala capital city festivals?", "luganda": "Ani ajjukira ebivvulu ebyategekebwanga ekitongole ekiddukanya ekibuga?" }, { "english": "We had so much fun yesterday.", "luganda": "Twasanyuse nnyo jjo." }, { "english": "The dancers are so stiff.", "luganda": "Abazinyi emigongo gyabwe gyakaluba nnyo." }, { "english": "We took some pictures at the festival.", "luganda": "Twakubye ebifaananyi mu kivvulu ." }, { "english": "She carried some blankets to the campfire.", "luganda": "Yagenze n'eby'okwebikka mu nkambi." }, { "english": "He answered only two questions.", "luganda": "Yazzeemu ebibuuzo bibiri byokka." }, { "english": "The festival boosts craft materials.", "luganda": "Omwoleso gutumbula eby'emikono." }, { "english": "She was born in October.", "luganda": "Yazaalibwa mu Okitobba." }, { "english": "They are performing today at the club.", "luganda": "Bajja kuyimba leero ku kiraabu." }, { "english": "He takes a glass of red wine every day.", "luganda": "Buli lunaku anywayo giraasi y'envinnyo emu." }, { "english": "We are having a blast at the party.", "luganda": "Akabaga kanyuma okufa obufi." }, { "english": "We look forward to positive engagement with them.", "luganda": "Tusuubira nti enteeseganya wakati waffe nabo zijja kutambula bulungi." }, { "english": "I will share the document with you later.", "luganda": "Nja kubawa ekiwandiiko edda." }, { "english": "The elderly lady has pain in her limbs and back.", "luganda": "Omukyala omukadde alumwa amagulu n'omugongo." }, { "english": "Trees have a life expectancy of around sixty years.", "luganda": "Emiti giwangaala emyaka nga nkaaga." }, { "english": "I want to retire from my job at fifty years.", "luganda": "Njagala okulekulira omulimu gwange nga ndi wa myaka ataano." }, { "english": "His children neglected him.", "luganda": "Abaana be baamwabulira." }, { "english": "She is now begging for money on the streets.", "luganda": "Kati asabiriza ssent ku nguudo." }, { "english": "He has worked at that factory for over ten years.", "luganda": "Akoledde mu kkolero eryo okumala emyaka egisukka mu kkumi." }, { "english": "He is working so hard.", "luganda": "Akola nnyo." }, { "english": "It is our responsibility to keep children safe.", "luganda": "Buvunaanyizibwa bwaffe okukuuma abaana." }, { "english": "I can’t believe she lied to us.", "luganda": "Sikikkiriza nti yatulimbye." }, { "english": "Some people are careless.", "luganda": "Abantu abamu tebeefiirayo." }, { "english": "We have been friends for a long time.", "luganda": "Tubadde ba mukwano okumala ebbanga ddene." }, { "english": "Does our culture define who we are?", "luganda": "Obuwangwa bwaffe bulaga ekyo kye tuli?" }, { "english": "He follows international politics.", "luganda": "Agoberera eby'obufuzi mu nsi yonna." }, { "english": "Some women experience joint pain during pregnancy.", "luganda": "Abakazi abamu balumwa ennyingo nga bali lubuto." }, { "english": "May I have your attention please?", "luganda": "Mbasaba mumpulirize?" }, { "english": "I have sent her to the market.", "luganda": "Mutumye mu katale." }, { "english": "Oil is the country's largest export.", "luganda": "Amafuta kye kintu eggwanga kye lisinga okutunda ebweru." }, { "english": "He produces juice for the local market only.", "luganda": "Akola eby'okunywa n'abitunda mu ggwanga." }, { "english": "My mother is very good at cooking.", "luganda": "Maama wange amanyi okufumba." }, { "english": "The farmer has bought planting seeds.", "luganda": "Omulimi aguze ensigo ez'okusimba." }, { "english": "I would like to buy an acre of land.", "luganda": "Njagala kugula eka y'ettaka." }, { "english": "The farmer has two children.", "luganda": "Omulimi alina abaana babiri." }, { "english": "His plants are growing.", "luganda": "Ebimera bye bikula." }, { "english": "Is that soil fertile?", "luganda": "Ettaka eryo ggimu?" }, { "english": "We saw them harvesting maize.", "luganda": "Twabalaba nga bakungula kasooli." }, { "english": "My daughter loves painting leaves.", "luganda": "Muwala wange ayagala okusiiga ebifaananyi by'ebikoola." }, { "english": "She is allergic to cold weather.", "luganda": "Obudde obunnyogovu bumuyisa bubi." }, { "english": "She spends a lot of time in the garden.", "luganda": "Amala obudde bungi mu nnimiro." }, { "english": "I am going to hang clothes.", "luganda": "Ngenda kwanika ngoye." }, { "english": "We need to replace all the bulbs in the house.", "luganda": "Twetaaga okukyusa bbalubu zonna eziri mu nnyumba." }, { "english": "The nuts are too hard to crack.", "luganda": "Ensigo si nnyangu kwasa olw'okuba zikaluba nnyo." }, { "english": "He is the owner of the store.", "luganda": "Ye nnanyini dduuka eryo." }, { "english": "The launch will take place tomorrow.", "luganda": "Okutongoza kujja kubaawo nkya." }, { "english": "He lost his family during the war.", "luganda": "Ab'enganda ze baafiira mu lutalo." }, { "english": "Our tour was put on hold.", "luganda": "Okulambula kwaffe kwayimirizibwa." }, { "english": "I miss my mother.", "luganda": "Nsubwa nnyo maama wange." }, { "english": "They were partying all night", "luganda": "Baabadde mu masanyu ekiro kyonna." }, { "english": "He wants to become a priest.", "luganda": "Ayagala kuba musosolodooti." }, { "english": "He has to pay for the damages he put on my car.", "luganda": "Alina okuliwa olw'okwonoona emmotoka yange." }, { "english": "The house is very dirty.", "luganda": "Ennyumba nkyafu nnyo." }, { "english": "I am taking my daughter to dancing school.", "luganda": "Muwala wange mutwala mu ssomero eritendeka okuzina." }, { "english": "I placed the framed pictures in a box.", "luganda": "Ekifaananyi ekiri mu fuleemu nnakitadde mu bbookisi." }, { "english": "Lawyers look smart in suits.", "luganda": "Bannamateeka balabika bulungi mu suuti." }, { "english": "His family is so poor.", "luganda": "Amaka mw'ava maavu nnyo." }, { "english": "Who is interested in buying this property?", "luganda": "Ani ayagala okugula ekizimbe kino?" }, { "english": "He always comes home late.", "luganda": "Bulijjo akomawo eka nga buyise." }, { "english": "His father died when he was two years old.", "luganda": "Taata we yafa nga wa myaka ebiri." }, { "english": "Have you thought of registering your business?", "luganda": "Olowoozezza ku ky'okuwandiisa bizineesi yo?" }, { "english": "Starting her own business was a good idea.", "luganda": "Kyali kya magezi okutandikawo bizineesi eyiye ku bubwe." }, { "english": "He concentrates so much on computer games.", "luganda": "Abeera nnyo ku mizannyo gya kompyuta." }, { "english": "Her youngest daughter witnessed the crime.", "luganda": "Muwala we asembayo obuto yalaba abaakola ekikolwa ekyo eky'obumenyi bw'amateeka." }, { "english": "They were all dressed in white.", "luganda": "Bonna baali bambadde byeru." }, { "english": "My son is playing video games with his father.", "luganda": "Mutabani wange azannya mizannyo gya kompyuta ne kitaawe." }, { "english": "She is singing for her little sister.", "luganda": "Ayimbira muganda we omuto." }, { "english": "He is a good driver.", "luganda": "Muvuzi mulungi." }, { "english": "It was nice catching up with you.", "luganda": "Nsanyuse nnyo okunyumyako naawe." }, { "english": "He is an expert in agriculture.", "luganda": "Mulimi mukugu." }, { "english": "Some parents discourage their children from joining the military.", "luganda": "Abazadde abamu bagaana abaana baabwe okuyingira amagye." }, { "english": "He is going for industrial training.", "luganda": "Agenda kutendekebwa mu kkolero." }, { "english": "Court will freeze his assets if he is found guilty.", "luganda": "Kooti ejja kussa envumbo ku bintu bye singa omusango gumukka mu vvi." }, { "english": "The military vehicles we saw yesterday were carrying food.", "luganda": "Mmotoka z'amagye ze twalabye jjo zaabadde zeetisse mmere." }, { "english": "The police made sure that civilians don't get hurt.", "luganda": "Abapoliisi baakakasizza nti abantu ba bulijjo tebakosebwa." }, { "english": "His truck was used to carry cargo during the war.", "luganda": "Emmotoka ye yakozesebwa okwetikka ebintu mu lutalo." }, { "english": "She uses the cloth material to make cushions.", "luganda": "Olugoye yalutungamu obutto bw'entebe." }, { "english": "The authorities are looking for two young men who robbed a supermarket.", "luganda": "Ab'obuyinza banoonya abavubuka babiri ababba mu ssemaduuka." }, { "english": "My aunt retired from her job when she was sixty years old.", "luganda": "Ssenga wange yawummula ku mulimu nga wa myaka nkaaga." }, { "english": "The communications officer refused to give any information to the press.", "luganda": "Omukungu w'ekitongole ky'eby'empuliziganya yagaanye okubaako by'abuulira bannamawulire." }, { "english": "He volunteered to chair the meeting.", "luganda": "Yeewaddeyo okukubiriza olukungaana." }, { "english": "His driving license will expire next week.", "luganda": "Layisinsi ye ey'okuvuga emmotoka ejja kuggwaako wiiki ejja." }, { "english": "I do not feel like going to the office today.", "luganda": "Saagala kugenda mu ofiisi leero." }, { "english": "The matter was settled in court.", "luganda": "Ensonga baagimalira mu kkooti ." }, { "english": "The President will address the nation on Monday.", "luganda": "Pulezidenti ajja kwogerako eri eggwanga ku Bbalaza." }, { "english": "She has kept a high profile during her first year as a school director.", "luganda": "Akoze bulungi mu mwaka gwe ogusoose nga ye dayirekita w'essomero." }, { "english": "I have a meeting with my boss today.", "luganda": "Nnina olukungaana ne mukama wange leero." }, { "english": "His son will be his successor.", "luganda": "Mutabani we y'ajja okumuddira mu bigere." }, { "english": "We hired a new house manager.", "luganda": "Twapangisizza maneja w'amayumba omupya." }, { "english": "My niece was appointed as a director of the firm.", "luganda": "Ow'enganda zange yalondebwa okuba dayirekita w'ekkolero." }, { "english": "He has good managerial skills.", "luganda": "Alina obumanyirivu mu kuddukanya ebintu." }, { "english": "She applied to the high court for a judicial review.", "luganda": "Yajulidde mu kkooti enkulu omusango gwe guddemu okuwulirwa." }, { "english": "This implies that women can also be Chief Executive Officers.", "luganda": "Ekyo kitegeeza nti abakazi nabo basobola okukulira ebitongole." }, { "english": "His family will take over his property when he travels.", "luganda": "Ab'enganda ze bajja kutwala ebintu bye bw'anaagenda." }, { "english": "She is now a senior officer.", "luganda": "Kati alina ekifo kya waggulu." }, { "english": "The mayor will assume office next month.", "luganda": "Meeya ajja kutwala ofiisi ye mu butongole omwezi ogujja." }, { "english": "The desert locusts ate all the maize in the garden.", "luganda": "Enzige ezaava mu ddungu zaalya kasooli yenna mu nnimiro." }, { "english": "Don't spray pesticides near the children's playground.", "luganda": "Tofuuyira ddagala lya biwuka okumpi n'ekisaawe abaana we bazannyira." }, { "english": "His crops were damaged by the strong wind.", "luganda": "Ebimera bye kibuyaga yabyonoona." }, { "english": "He has taken the cows for grazing.", "luganda": "Atutte nte ku ttale." }, { "english": "They could not go swimming because the waves were very strong.", "luganda": "Baali tebasobola kugenda kuwuga olw'okuba amayengo gaali mangi." }, { "english": "He is part of the climate change team.", "luganda": "Y'omu ku abo abalwanirira obutonde." }, { "english": "The heavy rains washed away the soil.", "luganda": "Enkuba ey'amaanyi yatutte ettaka." }, { "english": "They saw a swarm of bees in the forest.", "luganda": "Baalabye ekibinja ky'enjuki mu kibira." }, { "english": "The prisoners went on a hunger strike.", "luganda": "Abasibe baazize emmere." }, { "english": "The children saw insects in the garden.", "luganda": "Abaana baalabye ebiwuka mu nnimiro." }, { "english": "He controls traffic on the road.", "luganda": "Alungamya ebidduka ku luguudo." }, { "english": "Experts say locusts move in the direction of the wind.", "luganda": "Abakugu bagamba nti enzige zitambula ne mpewo." }, { "english": "What is the total population of Uganda?", "luganda": "Abantu bali bameka mu Uganda?" }, { "english": "The rain has reduced.", "luganda": "Enkuba ekendedde." }, { "english": "The sky is blue.", "luganda": "Eggulu lya bbulu." }, { "english": "We arrived from the village yesterday.", "luganda": "Twatuuse okuva mu kyalo jjo." }, { "english": "Some insects are edible.", "luganda": "Ebiwuka ebimu babirya." }, { "english": "They carry out farming on a large scale.", "luganda": "Balima ku kigero ekinene." }, { "english": "Women and men are so vulnerable.", "luganda": "Abakazi n'abasajja bonna bali mu bulabe." }, { "english": "He endured a lot of pain.", "luganda": "Yagumira obulumi bungi." }, { "english": "The country is experiencing a severe drought.", "luganda": "Eggwanga lirimu ekyeya eky'amaanyi." }, { "english": "He kept saying that his life was such a disaster.", "luganda": "Yagambanga nti mukyala we si mwangu n'akamu." }, { "english": "They were all shocked when she walked into the room.", "luganda": "Bonna beewuunyizza bwe yayingidde mu kisenge." }, { "english": "The firm dragged him to court over corruption.", "luganda": "Ekkolero lyamukubye mu mbuga z'amateeka olw'okulya enguzi." }, { "english": "He got lost in the desert.", "luganda": "Yabulira mu ddungu." }, { "english": "We are having boiled eggs for breakfast.", "luganda": "Tugenda kulya amagi amafumbe ku ky'enkya." }, { "english": "We will be harvesting wheat next month.", "luganda": "Tujja kukungula engaano omwezi ogujja." }, { "english": "The children planted trees in the compound.", "luganda": "Abaana baasimbye emiti mu luggya." }, { "english": "The farmers expected rain at the beginning of this month.", "luganda": "Abalimi baali basuubira enkuba okutonnya ku ntandikwa y'omwezi guno." }, { "english": "We have similar hobbies.", "luganda": "Tunyumirwa ebintu bye bimu." }, { "english": "He does not play any sport.", "luganda": "Talina muzannyo gwonna gw'azannya." }, { "english": "She has a sentimental attachment to the dress.", "luganda": "Ayagala nnyo ekiteeteeyi ekyo." }, { "english": "He really loves his job.", "luganda": "Ayagala nnyo omulimu gwe." }, { "english": "Only adults are allowed to drive cars.", "luganda": "Abantu abakulu be bokka abakkirizibwa okuvuga emmotoka." }, { "english": "Would you mind dancing with me?", "luganda": "Ofaayo singa ozinako nange?" }, { "english": "He has a unique outfit.", "luganda": "Olugoye lwe lwa njawulo." }, { "english": "What do scientists have to say about coronavirus?", "luganda": "Bannassaayansi boogera ki ku kirwadde kya corona?" }, { "english": "Do you know who his father is?", "luganda": "Omanyi taata we?" }, { "english": "What are your hobbies?", "luganda": "Biki by'osinga okunyumirwa?" }, { "english": "He failed to answer the question.", "luganda": "Yalemeddwa okuddamu ekibuuzo." }, { "english": "Who is not afraid of being infected with coronavirus?", "luganda": "Ani atatya kukwatibwa kirwadde kya corona?" }, { "english": "Everyone is concerned about her health.", "luganda": "Buli omu afaayo ku mbeera y'obulamu bwe." }, { "english": "The meeting is only for support staff.", "luganda": "Olukungaana lwa bakozi abo bokka abayambako." }, { "english": "People fear mass gatherings because of coronavirus.", "luganda": "Abantu batya enkungaana enene olw'ekirwadde kya corona." }, { "english": "She promised to buy her grandmother new clothes.", "luganda": "Yasuubiza okugulira jjajjaawe omukazi engoye empya." }, { "english": "He takes care of his body.", "luganda": "Afaayo ku mubiri gwe." }, { "english": "He had to get medical clearance so as to participate in the match.", "luganda": "Abasawo baalina okumuwa olukusa okuzannya omupiira." }, { "english": "The organizing committee did a great job.", "luganda": "Akakiiko akategesi kaakola omulimu mulungi nnyo." }, { "english": "Passengers were left stranded.", "luganda": "Abasaabaze baakonkomalidde ku nguudo." }, { "english": "There are two entrances to the venue.", "luganda": "Waliwo awayingirirwa wa mirundi ebiri." }, { "english": "They granted us access to the room.", "luganda": "Baatukkirizza okuyingira mu kisenge." }, { "english": "She is warming up the food for dinner.", "luganda": "Abugumya mmere ey'okulya eky'eggulo." }, { "english": "There is limited access to the building which is under construction.", "luganda": "Abantu batono abakkirizibwa okuyingira ekizimbe ekizimbibwa." }, { "english": "Her daughter likes putting on sports shoes.", "luganda": "Muwala we ayagala nnyo okwambala engatto z'eby'emizannyo." }, { "english": "She ran up to the finishing line.", "luganda": "Yadduse n'amalako embiro." }, { "english": "How many people are expected to attend the party?", "luganda": "Bantu bameka abasuubirwa okuba ku kabaga?" }, { "english": "She cleans her house before going to work.", "luganda": "Ayonja ennyumba ye nga tannagenda ku mulimu." }, { "english": "People can’t move without putting on masks.", "luganda": "Abantu tebasobola kutambula nga tebambadde bukookolo." }, { "english": "The traditional ceremony took place last week.", "luganda": "Omukolo gw'obuwangwa gwaliwo wiiki ewedde." }, { "english": "His wife teaches their children discipline.", "luganda": "Mukazi we ayigiriza abaana be empisa." }, { "english": "He has updated the database.", "luganda": "Alina by'ayongedde mu tterekero lya data." }, { "english": "Only twenty people attended the event.", "luganda": "Abantu abiri bokka be baaliwo ku mukolo." }, { "english": "Some funds were allocated to fieldwork.", "luganda": "Ssente ezimu baaziwaayo okuddukanya emirimu." }, { "english": "They found him with stolen items in the house.", "luganda": "Baamusanze n'ebintu ebibbe mu nnyumba." }, { "english": "He went to his brother's office to get some money.", "luganda": "Yagenda ku ofiisi ya muganda we okufuna ssente." }, { "english": "I am preparing documents for the meeting tomorrow.", "luganda": "Nteekateeka biwandiiko by'olukungaana olw'enkya." }, { "english": "She needs money to go to the market.", "luganda": "Yeetaaga ssente okugenda mu katale." }, { "english": "He has not yet recovered from malaria.", "luganda": "Tannawona musujja." }, { "english": "Court denied him bail.", "luganda": "Kkooti yagaana okumuta ku kakalu ka kkooti." }, { "english": "My son wants to be a judge when he grows up.", "luganda": "Mutabani wange ayagala kufuuka mulamuzi ng'akuze." }, { "english": "Most people who claim compensation for injury feel entitled.", "luganda": "Abantu abasinga abasaba okuliyirirwa olw'ebisago ebiba bibatuusiddwako baba balowooza nti ddembe lyabwe." }, { "english": "His assets were confiscated when he failed to pay the loan.", "luganda": "Ebintu bye byaboyebwa olw'okuba yalemererwa okusasula ebbanja." }, { "english": "They say he was involved in corruption.", "luganda": "Bagamba yeenyigira mu kulya enguzi." }, { "english": "What do you want to talk about?", "luganda": "Oyagala kwogera ku ki?" }, { "english": "Some Ugandans like playing golf.", "luganda": "Bannayuganda abamu baagala okuzannya goofu." }, { "english": "They are winning the match.", "luganda": "Bawangula omuzannyo." }, { "english": "He is involved in sports.", "luganda": "Yeenyigira mu by'emizannyo." }, { "english": "When she was a youth she would travel around East Africa.", "luganda": "Bwe yali akyali muvubuka yatalaaga ebitundu bingi mu buvanjuba bwa Afirika." }, { "english": "She said Uganda will win the competition", "luganda": "Yagamba nti Uganda ejja kuwangula empaka." }, { "english": "Parents always defend their children.", "luganda": "Abazadde bulijjo bawolereza abaana baabwe." }, { "english": "Uganda was involved in the war.", "luganda": "Uganda yeenyigira mu lutalo." }, { "english": "My aunt has white flowers in her garden.", "luganda": "Ssenga wange alina ebimuli ebyeru mu nnimiro ye." }, { "english": "She drove the car past the golf club.", "luganda": "Yavuga emmotoka n'ayita ku kiraabu ya goofu." }, { "english": "His sons also play golf.", "luganda": "Batabani be nabo bazannya goofu." }, { "english": "She is good at playing tennis.", "luganda": "Azannya bulungi ttena." }, { "english": "Temporary barriers were installed to stop cars from entering.", "luganda": "Baateekawo emiziziko okulemesa emmotoka okuyingira." }, { "english": "His uncle was involved in a car accident.", "luganda": "Kojja we yagwa ku kabenje." }, { "english": "Her son was diagnosed with cancer.", "luganda": "Mutabani we baamuzuulamu kookolo." }, { "english": "He won the fight.", "luganda": "Yawangula olulwana." }, { "english": "The two rival officials suspended their campaigns.", "luganda": "Abakungu ababiri abavuganya baayimiriza kampeyini zaabwe." }, { "english": "They celebrate Christmas in the village.", "luganda": "Ssekukulu baagikuliza mu kyalo." }, { "english": "The children are waiting for the teacher to read for them a story.", "luganda": "Abaana balindirira omusomesa okubasomera olugero." }, { "english": "He drove slowly behind the truck.", "luganda": "Yavuga mpola ng'ali mabega wa loole." }, { "english": "The farmer claims that the land belongs to him.", "luganda": "Omulimi agamba nti ettaka lilye." }, { "english": "She is a talented fashion designer.", "luganda": "Mutunzi wa ngoye mukugu." }, { "english": "These days ladies are capable of challenging men.", "luganda": "Ennaku zino abakazi basobola bulungi okuvuganya abasajja." }, { "english": "Her husband took a break from work because of her health.", "luganda": "Omwami we yawummuzaamu okukola olw'okuba mukyala we yali mulwadde." }, { "english": "The lame ducks cannot swim properly.", "luganda": "Embaata ennema tezisobola kuwuga bulungi." }, { "english": "Her husband treats her like a queen.", "luganda": "Omwami we amuyisa nga nnaabakyala." }, { "english": "She reads magazines as she waits for her coffee.", "luganda": "Asoma magazini nga bw'alinda kaawa we." }, { "english": "My brother will be our son's godfather.", "luganda": "Muganda wange y'ajja okuba kalabaalaba wa mutabani waffe." }, { "english": "Her mother inspired her to start baking.", "luganda": "Maama we ye yamukubiriza okutandika okufumba keeki." }, { "english": "My niece could not finish the juice because it was stale.", "luganda": "Ow'enganda zange yali tasobola kumalamu mata olw'okuba gaali gafudde." }, { "english": "Children like to play hide and seek.", "luganda": "Abaana baagala nnyo okuzannya omuzannyo gwa jjangu okwekule." }, { "english": "She is a brilliant student.", "luganda": "Mwana mugezi nnyo." }, { "english": "He turned eighteen yesterday.", "luganda": "Yawezezza emyaka kkumi na munaana jjo." }, { "english": "The finance manager has gone to the bank.", "luganda": "Maneja w'eby'ensimbi agenze mu bbanka." }, { "english": "He took a break from acting.", "luganda": "Yawummulamu eby'akatemba." }, { "english": "My son follows me everywhere.", "luganda": "Mutabani wange angoberera buli wamu." }, { "english": "I will return the book tomorrow.", "luganda": "Ekitabo nja kukizza enkya." }, { "english": "She managed to complete the race despite having an injury.", "luganda": "Yasobola okumalako embiro wadde nga yalina obuvune." }, { "english": "The pupils did their work on time.", "luganda": "Abayizi ebintu bye baabawadde okukolako baabikoledde mu budde." }, { "english": "He is a professional accountant.", "luganda": "Mubalirizi w'ebitabo mukugu." }, { "english": "He started his career immediately after graduation.", "luganda": "Yatandikirawo okukola amangu ddala nga yaakamala okusoma." }, { "english": "The coach said we will train for two hours only.", "luganda": "Omutendesi yagambye nti tujja kutendekera essaawa bbiri zokka." }, { "english": "Our sons play golf together.", "luganda": "Batabani baffe bazannyira wamu goofu." }, { "english": "The police report indicates that there has been an increase in motor accidents.", "luganda": "Alipoota ya poliisi eraga nti obubenje ku nguudo bweyongedde." }, { "english": "My neighbor gave birth to twins.", "luganda": "Muliraanwa wange yazadde balongo." }, { "english": "My daughter was among the best students in the school.", "luganda": "Muwala wange y'omu ku baana abaasinze okukola obulungi ku ssomero ." }, { "english": "She borrowed two history books from the library.", "luganda": "Yeewola ebitabo by'ebyafaayo bibiri okuva mu tterekero ly'ebitabo." }, { "english": "He showed us his new shoes.", "luganda": "Yatulaze engatto ze empya." }, { "english": "The thieves snatched her handbag as she moved across the street.", "luganda": "Ababbi baamunyakuddeko ensawo ye ng'atambula mu kkubo." }, { "english": "It started raining while I was driving home.", "luganda": "Enkuba yatandise okutonnya nga nvuga okudda eka." }, { "english": "The team won three games in the league.", "luganda": "Ttiimu yawangudde emipiira esatu mu liigi." }, { "english": "Uganda cranes topped the table.", "luganda": "Ttiimu ya Uganda ey'eggwanga yamalidde waggulu ku kimeeza." }, { "english": "We had to add him to the guest list.", "luganda": "Twabadde tulina okumugatta ku lukalala lw'abagenyi." }, { "english": "My cousin will compete in the singing competition.", "luganda": "Ow'enganda zange ajja kuvuganya mu mpaka z'okuyimba." }, { "english": "When he got up he felt dizzy so he sat again.", "luganda": "Bwe yasituse yawulidde kantoolooze n'addamu n'atuula." }, { "english": "Can you wake up early tomorrow?", "luganda": "Osobola okuzuukuka nga bukyali enkya?" }, { "english": "The local farmer harvests big watermelons.", "luganda": "Omulimi w'omu kitundu akungula wootameroni ennene." }, { "english": "They celebrated twenty years of marriage.", "luganda": "Baajaguza emyaka abiri mu bufumbo." }, { "english": "She collapsed on stage during the performance.", "luganda": "Yazirikidde ku siteegi ng'ayimba." }, { "english": "He prefers to work with an individual rather than a company.", "luganda": "Asinga kwagala kukola na muntu so si na kampuni." }, { "english": "He was suspended from playing football.", "luganda": "Yawerebwa okuzannya omupiira." }, { "english": "The sports ground has not been in use since March last year.", "luganda": "Ekisaawe kibadde tekikozesebwa okuva mu Maaki w'omwaka oguwedde." }, { "english": "Women can also play football.", "luganda": "Abakazi nabo basobola okuzannya omupiira." }, { "english": "He looked sad when he left the house.", "luganda": "Yavudde mu nnyumba nga munakuwavu." }, { "english": "She has been working abroad for two years.", "luganda": "Amaze emyaka ebiri ng'akolera mu nsi za bweru." }, { "english": "The media captured the whole event.", "luganda": "Bannamawulire baakutte omukolo gwonna." }, { "english": "The judges will select the finalists.", "luganda": "Abalamuzi bajja kulonda abanaaba mu mpaka ez'akamalirizo." }, { "english": "The lecturer told his students to write an essay about the lockdown.", "luganda": "Omusomesa yagambye abayizi okuwandiika emboozi ekwata ku muggalo." }, { "english": "He is a footballer.", "luganda": "Muzannyi wa mupiira." }, { "english": "His fans welcomed him back to the game.", "luganda": "Abawagizi be baamwanirizza bwe yakomyewo okuzannya." }, { "english": "They had a discussion behind closed doors.", "luganda": "Baabadde n'enteeseganya nga beggalidde mu kisenge." }, { "english": "The dinner was scheduled for Friday evening.", "luganda": "Ekijjulo kya kubaawo ku Lwokutaano akawungeezi." }, { "english": "The party will take place at a restaurant near home.", "luganda": "Akabaga kajja kuba ku kirabo ky'emmere ekiri okumpi n'awaka." }, { "english": "She said she has some good news for us.", "luganda": "Yatugamba nti alina amawulire amalungi ag'okutubuulira." }, { "english": "Children are expected to start school next month.", "luganda": "Abayizi basuubirwa okuddamu okusoma omwezi ogujja." }, { "english": "He chose treatment with fewer side effects.", "luganda": "Yalonda obujjanjabi obutalina buzibu bungi." }, { "english": "The swimming competitions will take place tomorrow.", "luganda": "Empaka z'okuwuga zijja kubaawo enkya." }, { "english": "Please buy me some newspapers from the supermarket.", "luganda": "Nsaba ongulire empapula z'amawulira mu ssemaduuka." }, { "english": "He is playing in the top finals.", "luganda": "Azannyira mu mpaka za babinywera." }, { "english": "The team is looking forward to the next season.", "luganda": "Ttiimu yeesunga sizoni eddako." }, { "english": "Some children suffer a lot from bacterial infections.", "luganda": "Abaana abamu bakosebwa nnyo endwadde ezireetebwa obuwuka." }, { "english": "The basketball tournament was postponed to next year.", "luganda": "Empaka z'ensero zaayongezebwayo era za kubaawo omwaka ogujja." }, { "english": "He travels to different countries every year.", "luganda": "Buli mwaka agenda mu nsi endala." }, { "english": "He is a quick decision-maker.", "luganda": "Talwawo kusalawo." }, { "english": "A number of patients were admitted to the hospital.", "luganda": "Abalwadde abawerako baaweebwa ebitanda mu ddwaliro." }, { "english": "She wants to visit two cities in Uganda.", "luganda": "Ayagala okukyalako mu bibuga bibiri mu Uganda." }, { "english": "We are ready to set off.", "luganda": "Tuli beetegefu okusimbula." }, { "english": "The meeting was postponed because of an emergency.", "luganda": "Olukungaana lwayongezebwayo olw'ebigwa bitalaze." }, { "english": "She cut off communication with him after the divorce.", "luganda": "Yalekera awo okuwuliziganya naye oluvannyuma lw'okugattululwa naye." }, { "english": "What are the symptoms of malaria?", "luganda": "Obubonero bw'omusujja bwe buliwa?" }, { "english": "We met at his office today.", "luganda": "Twasisinkanye ku ofiisi ye leero." }, { "english": "My suspicion was confirmed by the laboratory tests", "luganda": "Kye nnabadde nteebereza kyakakasiddwa ebyavudde mu kunoonyereza kw'abasawo." }, { "english": "He had no clue that the detective was following her.", "luganda": "Yali tamanyi nti omunoonyereza yali amugoberera." }, { "english": "The Tigers got the bird flu virus after eating raw chicken.", "luganda": "Tayiga zaafunye ssenyiga w'ebinyonyi oluvannyuma lw'okulya enkoko embissi." }, { "english": "She is writing an essay about coronavirus.", "luganda": "Awandiika emboozi ekwata ku kirwadde kya corona." }, { "english": "The health officers quickly attended to her when she arrived at the hospital.", "luganda": "Abasawo baayanguye okumukolako nga yaakatuuka ku ddwaliro." }, { "english": "She looks weak today is she sick?", "luganda": "Alabika nga mugonvu leero oba mulwadde?" }, { "english": "I am teaching my children to manage their emotions.", "luganda": "Abaana bange mbayigiriza okufuga enneewulira zaabwe." }, { "english": "European countries lost very many people to coronavirus.", "luganda": "Abantu bangi nnyo mu nsi za Bulaaya baafa obulwadde bwa corona." }, { "english": "He is a medical student.", "luganda": "Asomerera busawo." }, { "english": "She found favor before the boss.", "luganda": "Mukama we yamwagala." }, { "english": "Her parents sent her to stay with her rich uncle.", "luganda": "Bazadde be baamusindika abeere ne kojja we omugagga." }, { "english": "Mother makes special clothes with ribbons buttons and beads.", "luganda": "Maama akola engoye ez'enjawulo mu liboni amapeesa n'embira." }, { "english": "My uncle lives in a nearby village.", "luganda": "Kojja wange abeera mu kyalo ekiri okumpi awo." }, { "english": "We streamed the show live via YouTube.", "luganda": "Ebyali bigenda mu maaso twabira butereevu okuyitira ku youtube." }, { "english": "She mopped the house.", "luganda": "Yasiimmula ennyumba." }, { "english": "Where are you going at this time?", "luganda": "Ogenda wa essaawa eno?" }, { "english": "I was also on my way to work.", "luganda": "Nnange mbadde ngenda ku mulimu." }, { "english": "We set off from church at the same time.", "luganda": "Ku kkanisa twavaayo kiseera kye kimu." }, { "english": "The woman was smartly dressed in beautiful clothes.", "luganda": "Omukazi yali anesenese mu ngoye ezirabika obulungi." }, { "english": "The tailor gave her the dress to try on.", "luganda": "Omutunzi yamuwa olugoye yeegezeemu." }, { "english": "She gave out some of her clothes to the needy.", "luganda": "Engoye ze ezimu yaziwa abaavu." }, { "english": "What is the importance of a tail on animals?", "luganda": "Omukira gwa mugaso ki ku nsolo?" }, { "english": "When we realized that the girl was not well we took her to the hospital.", "luganda": "Bwe twamanya nti omuwala tali bulungi twamutwala mu ddwaliro." }, { "english": "The necklace was made from small beads.", "luganda": "Eky'omu bulago kyakolebwa mu bubiira obutono." }, { "english": "Why are you wearing a sweater on such a hot day?", "luganda": "Lwaki oyambadde sweeta mu budde nga buno obw'ebbugumu?" }, { "english": "There are seven hills in Kampala.", "luganda": "Mu Kampala mulimu obusozi musanvu." }, { "english": "You have to pay back my money.", "luganda": "Ssente zange olina okuzisasula." }, { "english": "My sister and I wear the same size of shoes.", "luganda": "Nze ne muganda wange twambala sayizi y'emu ey'engaato." }, { "english": "Our field is on two acres of land.", "luganda": "Ennimiro yaffe eweza yikka bbiri ez'ettaka." }, { "english": "We reached late for the party.", "luganda": "Ku kabaga twatuukayo kikeerezi." }, { "english": "It is not good to take what does not belong to you.", "luganda": "Tekiba kirungi okutwala ekintu ekitali kikyo." }, { "english": "We are still working online because of the pandemic.", "luganda": "Tukyakolera ku mukutu olw'ekirwadde." }, { "english": "Most people in his village live in huts.", "luganda": "Abantu abasinga obungi mu kyalo kye basula mu nsiisira." }, { "english": "She pushed her friend into the swimming pool.", "luganda": "Yasindika munne mu kiddiba ekiwugirwamu." }, { "english": "The poor man's children wear clothes with holes.", "luganda": "Abaana b'omusajja omwavu baambala engoye enjulifu." }, { "english": "Every minister is given a security car.", "luganda": "Buli minisita aweebwa emmotoka ey'eby'okwerinda." }, { "english": "After eating food we had to leave the restaurant.", "luganda": "Bwe twamala okulya emmere twalina okuva mu kirabo ky'emmere." }, { "english": "The women turned to look at the handsome man.", "luganda": "Abakazi baakyuka ne batunuulira omusajja alabika obulungi." }, { "english": "The cow dung which is in the kraal will be taken to the garden as manure.", "luganda": "Obusa obuli mu kiraalo bujja kutwalibwa mu nnimiro bukole ng'ekigimusa." }, { "english": "The old man's hut was burnt down.", "luganda": "Akasiisira k'omusajja omukadde kaayokebwa." }, { "english": "My niece is an intelligent girl.", "luganda": "Muwala wa mwannyinaze mugezi nnyo." }, { "english": "The criminal hid away from the police.", "luganda": "Omuzzi w'emisango yeekwaka poliisi." }, { "english": "Why do her children look miserable?", "luganda": "Lwaki abaana be balabika nga bannakuwavu?" }, { "english": "My uncle stays alone in his house.", "luganda": "Kojja wange abeera yekka mu nnyumba." }, { "english": "I met him on my way to the well.", "luganda": "Nnamusisinkana nga ngenda emmugga." }, { "english": "Someone stole my clothes from the wire.", "luganda": "Waliwo eyabba engoye zange okuva ku waya." }, { "english": "Some people are miserable because of the problems they have.", "luganda": "Abantu abamu bannakuwavu olw'ebizibu bye balina." }, { "english": "I first heard that song on the radio.", "luganda": "Oluyimba olwo nnasooka kuluwulirira ku leediyo." }, { "english": "The song has simple lyrics.", "luganda": "Oluyimba lulina ebigambo ebyangu." }, { "english": "She walked while singing to herself.", "luganda": "Yatambula nga yeeyimbira." }, { "english": "He listens only to gospel songs.", "luganda": "Awuliriza nnyimba za ddiini zokka." }, { "english": "What happened to your leg?", "luganda": "Okugulu kwo kwabaaki?" }, { "english": "She hides her money under the mattress.", "luganda": "Ssente ze azitereka wansi w'omupaliso." }, { "english": "We laid a trap in order to catch the rats.", "luganda": "Twatega omutego okusobola okukwasa emmese." }, { "english": "Grandmother drinks milk tea every morning.", "luganda": "Jjajja omukazi annywa amata buli ku makya." }, { "english": "After digging the holes we placed the seeds into the ground.", "luganda": "Bwe twamala okusima ebinnya twabiteekamu ensigo." }, { "english": "All the girls in the village took part in the netball competitions.", "luganda": "Abawala b'omu kyalo bonna beenyigira mu mpaka z'omupiira gw'okubaka." }, { "english": "He was worried about what his children will eat tomorrow", "luganda": "Yali yeeraliikiridde abaana be kye bannalya enkya." }, { "english": "She drank a cold glass of juice because she was thirsty.", "luganda": "Yannywa giraasi y'omubisi ogunyogoga olw'okuba ennyonta yali emuluma." }, { "english": "The dog's tail was cut off.", "luganda": "Omukira gw'embwa gwatemebwako." }, { "english": "Men disrespected her because of her dressing style", "luganda": "Abasajja baamuyisaamu amaaso olw'ennyambala ye." }, { "english": "She jumped from the tall building and broke her leg.", "luganda": "Yabuuka okuva ku kizimbe ekiwanvu n'amenyeka okugulu." }, { "english": "At home we do the housework in turns.", "luganda": "Awaka emirimu gy'awaka tugikolera mu mpalo." }, { "english": "He successfully jumped the wide trench.", "luganda": "Yasobola okubuuka oluwonko olugazi." }, { "english": "Some cows do not produce milk.", "luganda": "Ente ezimu tezivaamu mata." }, { "english": "He mixed the sand with cement and water.", "luganda": "Yatabula omusenyu ne seminti n'amazzi." }, { "english": "We reached the end of the road and turned back.", "luganda": "Twatuuka ekkubo we likoma ne tudda emabega." }, { "english": "She started staying with her uncle when her mother died.", "luganda": "Maama we bwe yafa yatandika okubeera ne kojja we." }, { "english": "What does it take to become an author?", "luganda": "Kyetaagisa ki okufuuka omuwandiisi?" }, { "english": "What is the source of this information?", "luganda": "Ebigambo bino bisibuka ludda wa?" }, { "english": "We read a number of African storybooks in the literature class.", "luganda": "Tusoma ebitabo bingi ebirimu ebyafaayo ebikwata ku Afirika nga tuli mu kibiina eky'okusoma ebitabo." }, { "english": "Some foreign companies have exited the Ugandan market.", "luganda": "Kampuni ezimu engwira zivudde mu katale ka Uganda." }, { "english": "Who is your best friend?", "luganda": "Ansi asinga okuba mukwano gwo?" }, { "english": "He passed his examinations in first grade.", "luganda": "Ebigezo yabiyitira ku ddaala erisooka." }, { "english": "She is always the best student in the class.", "luganda": "Bulijjo ye muyizi asinga mu kibiina." }, { "english": "His schoolmates admire his intelligence.", "luganda": "Bayizi banne beegomba amagezi ge." }, { "english": "My son is excellent at reading and writing.", "luganda": "Mutabani wange mulungi nnyo mu kusoma n'okuwandiika." }, { "english": "She comes from very far but she is always early at school.", "luganda": "Ava wala nnyo naye atera okutuuka ku ssomero nga bukyali." }, { "english": "I have read a lot of books.", "luganda": "Nsomye ebitabo bingi nnyo." }, { "english": "He spends all his free time reading.", "luganda": "Ebiseera bye eby'eddembe byonna abimalira mu kusoma." }, { "english": "How much pocket money do your parents give you?", "luganda": "Ssente mmekka ez'okwekuumisa bazadde bo ze bakuwa?" }, { "english": "He bought a book from his savings.", "luganda": "Yagula ekitabo okuva ku ssente ze yali atereka." }, { "english": "I do not have any money in my pocket.", "luganda": "Ssirina ssete yonna mu nsawo yange." }, { "english": "The cows are milked in the morning and evening.", "luganda": "Ente zikamwa ku makya n'akawungeezi." }, { "english": "On average how many liters of milk can one cow produce?", "luganda": "Okutwalira awamu lita mmekka ez'amata ezisobola okuva mu nte emu?" }, { "english": "His father has a dairy shop.", "luganda": "Taata we alina edduuka eritunda amata." }, { "english": "At what time does the herdsman take the cows for grazing?", "luganda": "Kiseera ki omulaalo ky'atwalirako ente okuzirunda?" }, { "english": "He milks the cows every day after work.", "luganda": "Akama ente buli lunaku ng'amaze okukola." }, { "english": "His father gives him pocket money so that he can buy eats while at school.", "luganda": "Kitaawe amuwa ssente asobole okwegulira eby'okulya ng'ali ku ssomero." }, { "english": "The boy saves his money in a saving box.", "luganda": "Omulenzi atereka ssente ze mu kasanduuko." }, { "english": "Her mother gave us a bunch of carrots.", "luganda": "Maama we yatuwa ekinywa kya karoti." }, { "english": "She eats raw carrots.", "luganda": "Alya karoti embisi." }, { "english": "What kind of vegetables do you grow?", "luganda": "Nva ki endiirwa z'olima?" }, { "english": "He has twenty employees working on his farm.", "luganda": "Alina abakozi amakumi abiri abakola mu faamu ye." }, { "english": "We ate raw cabbages in the salads.", "luganda": "Twalya emboga embisi mu saladi." }, { "english": "How many people will be invited to the function?", "luganda": "Abantu bameka abanaayitibwa ku mukolo?" }, { "english": "His father warned him against being rebellious.", "luganda": "Kitaawe yamulabula ku bikwata ku kuba omujeemu." }, { "english": "He milks the cows with his own hands.", "luganda": "Akozesa ngalo ze okukama ente." }, { "english": "Winter is associated with snow.", "luganda": "Ekiseer eby'obutiti kikwataganyizibwa n'omuzira." }, { "english": "Rain is the main natural source of water.", "luganda": "Enkuba kye kintu eky'obutonde ekisinga okuvaamu amazzi." }, { "english": "It is healthy for a human being to drink water on a daily basis.", "luganda": "Kirungi omuntu okunywa amazzi buli lunaku." }, { "english": "She put water into the bucket and went to bathe.", "luganda": "Yateeka amazzi mu kalobo n'agenda okunaaba." }, { "english": "He can carry a twenty-liter jerrycan of water.", "luganda": "Asobola okusitula ekidomola ky'amazzi ekya lita amakumi abiri." }, { "english": "A bucket is one of the school requirements in a boarding school.", "luganda": "Akalobo kye kimu ku bintu ebyetaagisibwa mu ssomero ly'ekisulo." }, { "english": "We poured food into the trough for the hens and cocks to eat.", "luganda": "Emmere twagiyiwa mu katiba enkoko zisobole okugirya." }, { "english": "The truck brought seven trips of sand.", "luganda": "Loole yaleeta luutu musanvu ez'omusenyu." }, { "english": "She had a challenge of solving mathematical problems.", "luganda": "Yalina ekizibu eky'okukola ekibalo." }, { "english": "How much is a fifty kilogram sack of sugar?", "luganda": "Ensawo ya sukaali eya kilo amakumi ataano egula ssente mmeka?" }, { "english": "She plans for all her weekly expenses.", "luganda": "Akola enteekateeka ekwata ku nsaasanya ye eya buli wiiki." }, { "english": "Why do people save money?", "luganda": "Lwaki abantu baterekawo ssente?" }, { "english": "What do you get when you subtract two from four?", "luganda": "Ofuna ki bw'oyawula ebbiri ku nnya?" }, { "english": "The month of February has twenty eight to twenty nine days.", "luganda": "Omwezi gwa Febwali gubaamu ennaku abiri mu munaana oba abiri mu mwenda." }, { "english": "He milks the cows twice a day.", "luganda": "Ente azikama emirundi ebiri olunaku." }, { "english": "Local breed cows do not produce a lot of milk.", "luganda": "Ente z'ekinnansi tezivaamu mata mangi." }, { "english": "He wants to learn how to milk cows.", "luganda": "Ayagala kuyiga kukama nte." }, { "english": "One day I will have my own livestock farm.", "luganda": "Olumu nja kubeera ne faamu eyange ku bwange ey'ente." }, { "english": "The quantity of milk is measured in litres.", "luganda": "Obungi bw'amata bupimibwa mu lita." }, { "english": "How much does a litre of milk cost?", "luganda": "Lita y'amata eggula ssente mmekka?" }, { "english": "He donates litres of milk to the school feeding scheme every Monday.", "luganda": "Awaayo lita z'amata ku buli lwa Bbalaza eri enteekateeka y'okuliisa essomero." }, { "english": "Milk is highly perishable.", "luganda": "Amata goonooneka mangu." }, { "english": "The children drank the milk yesterday.", "luganda": "Abaana banywedde amata jjo." }, { "english": "His father gives him a commission on each litre of milk he sells.", "luganda": "Kitaawe alina ssente z'amuwaako ku buli lita y'amata gy'atunda." }, { "english": "How many litres of milk does he sell in a day?", "luganda": "Atunda lita mmekka ez'amata buli lunaku?" }, { "english": "How often do you visit the bookshop?", "luganda": "Emirundi emmekka gy'ogenda mu dduuka ly'ebitabo?" }, { "english": "His father bought him a History textbook.", "luganda": "Kitaawe yamugulira ekitabo ekiyigiriza Ebyafaayo." }, { "english": "He loves to play basketball.", "luganda": "Ayagala okuzannya omupiira gw'ensero." }, { "english": "Is it true that milk helps to build strong bones and teeth?", "luganda": "Kituufu nti amata gayamba mu kuggumya amagumba n'amannyo." }, { "english": "Vegetables help in building a strong and healthy body.", "luganda": "Enva endiirwa ziyamba mu kuzimba omubiri ne guba mulamu bulungi." }, { "english": "I rarely fall sick.", "luganda": "Sitera kulwala." }, { "english": "Thank you very much sir.", "luganda": "Weebale nnyo ssebo." }, { "english": "My mother eats spinach leaves.", "luganda": "Maama wange alya ebikoola bya sipinaki." }, { "english": "He is strong healthy and clever.", "luganda": "Alina amaanyi mulamu bulungi era mugezi." }, { "english": "He is attentive in class and that is why he is among the top students.", "luganda": "Assaayo omwoyo mu kibiina era eyo ye nsonga lwaki y'omu ku baana abasingayo okuba abagezi." }, { "english": "Why is she your best friend?", "luganda": "Lwaki ye mukwano gwo asinga bonna?" }, { "english": "Make more friends than enemies.", "luganda": "Ba n'emikwano mingi okusinga abalabe." }, { "english": "The young man was very respectful to his parents and to all the other people in the village.", "luganda": "Omulenzi yali assaamu nnyo ekitiibwa bazadde be era n'abantu abalala bonna mu kyalo." }, { "english": "What is the name of the school you study from?", "luganda": "Essomero gy'osomera liyitibwa litya?" }, { "english": "I do not know why Monday is a busy day for most people.", "luganda": "Simanyi nsonga lwaki olunnaku lwa Bbalaza lubaamu eby'okukola bingi eri abantu abasinga obungi." }, { "english": "At what time do you leave school?", "luganda": "Ku ssomero ovvaayo ssaawa mmekka?" }, { "english": "People make friends through conversations.", "luganda": "Abantu bakola emikwano okuyitira mu kunyumya." }, { "english": "Some students were expelled from school because of being indiscipline.", "luganda": "Abayizi abamu baagobebwa ku ssomero olw'okweyisa obubi." }, { "english": "He joined the company of bad people.", "luganda": "Yeegatta ku kibiina ky'abantu ababi." }, { "english": "The kind of friends you have can influence your character.", "luganda": "Emikwano gy'oba nagyo giyinza okubaako kye gikola ku nneeyisa yo." }, { "english": "Bad character corrupts good morals.", "luganda": "Empisa embi zoonoona empisa ennungi." }, { "english": "Bullies make other people's lives miserable.", "luganda": "Abayigganya abalala baleetera obulamu bwabwe okuba obuzibu." }, { "english": "He took a lot of alcohol and became very drunk.", "luganda": "Yanywa omwenge mungi n'atamiira." }, { "english": "Sexually Transmitted Diseases are contracted through sexual contact.", "luganda": "Endwadde ez'ekikaba zifunibwa okuyitira mu kwegatta." }, { "english": "He made jokes that made us laugh.", "luganda": "Yasaagirira era ne kituleetera okuseka." }, { "english": "Clinics bring medical services closer to people.", "luganda": "Obulwaliro obutonotono buleeta obujjanjabi okumpi n'abantu." }, { "english": "He got better after the medication.", "luganda": "Yatereera oluvannyuma lw'okufuna obujjanjabi." }, { "english": "It is good to take off some time and reflect.", "luganda": "Kiba kirungi okufunayo akadde okufumiitiriza." }, { "english": "Some friends are indirectly our enemies.", "luganda": "Mikwano gyaffe egimu giyinza okuba nga balabe baffe abeekusifu." }, { "english": "She works at school as a cleaner.", "luganda": "Ku ssomero akolayo gwa kuyonja." }, { "english": "She taught her children how to behave well in public.", "luganda": "Yayigiriza abaana be engeri y'okweyisaamu obulungi nga bali mu bifo eby'olukale." }, { "english": "While he was drunk he embarrassed his wife before everyone.", "luganda": "Bwe yali ng'atamidde yaswazaswaza mukyala we eri buli muntu yenna." }, { "english": "My friend has very many enemies.", "luganda": "Mukwano gwange alina abalabe bangi nnyo." }, { "english": "He wrote the story in his mother tongue.", "luganda": "Yabiwandiika mu lulimi lwe." }, { "english": "My brother is reading a school book.", "luganda": "Muganda wange asoma ekitabo ky'essomero." }, { "english": "My mother is reading her bible.", "luganda": "Maama wange asoma Bayibuli ye." }, { "english": "My sister is reading a recipe book.", "luganda": "Mwannyinaze asoma ekitabo ekiyigiriza okufumba." }, { "english": "My uncle is sitting in his chair reading a newspaper.", "luganda": "Kojja wange atudde mu ntebe ye asoma olupapula lw'amawulire." }, { "english": "We bought a bridal magazine.", "luganda": "Twagula magazini eyogera ku bagole." }, { "english": "I was looking at the pictures in the album.", "luganda": "Mbadde ndaba bifaananyi mu alubbamu." }, { "english": "He read his class notes and passed the examinations.", "luganda": "Yasoma bye yawandiika mu kibiina era n'ayita ebigezo." }, { "english": "In my family we are all light-skinned.", "luganda": "Ewaffe ffena tuli beeru." }, { "english": "Why are most medicines sour?", "luganda": "Lwaki eddagala erisinga obungi liba likaawa?" }, { "english": "Uganda is one of the countries with a high crime rate.", "luganda": "Uganda y'emu ku nsi ezirimu obumenyi bw'amateeka obungi." }, { "english": "He has a lot of money saved on his bank account.", "luganda": "Alina ssente nnyingi nnyo ku akawunta ye eya bbanka." }, { "english": "She planted cassava on two acres.", "luganda": "Yasimba muwogo ku yiikka bbiri." }, { "english": "What inspired you to become a lawyer?", "luganda": "Kiki ekyakuleetera okuba munnamateeka?" }, { "english": "The two best friends have the same surname.", "luganda": "Ab'emikwano ababiri abaagalana ennyo bafaanaganya amannya ag'ekikka." }, { "english": "He drinks alcohol every evening.", "luganda": "Annywa omwenge buli kawungeezi." }, { "english": "The whole village knows that her husband is a drunkard.", "luganda": "Ekyalo kyonna kimanyi nti omwami we mutamiivu." }, { "english": "The poison he took killed him instantly.", "luganda": "Obutwa bwe yannywa bwamuttirawo." }, { "english": "People were running away from tear gas.", "luganda": "Abantu baali baduuka omukka ogubalagala." }, { "english": "There was no salt in the food.", "luganda": "Mu mmere temubaddemu munnyo." }, { "english": "We pray together as a family every night before going to bed.", "luganda": "Tusabira wamu ng'amaka buli kiro nga tetunnagenda kwebaka." }, { "english": "We had noise in the neighborhood and woke up.", "luganda": "Twawulira oluyogaano ku muliraano ne tuzuukuka." }, { "english": "Hyenas are said to be cunning animals.", "luganda": "Kigambibwa nti empisi nsolo za lukujjukujju." }, { "english": "We are tired of people who do not respect others.", "luganda": "Tukooye abantu abatassa kitiibwa mu balala." }, { "english": "He tricked the woman and stole her bag.", "luganda": "Yasalira omukazi amagezi n'amubbako ensawo ye." }, { "english": "She waited for her husband to come back home.", "luganda": "Yalindirira omwami we okudda ekka." }, { "english": "Sometimes our father does not come back at home.", "luganda": "Oluusi taata waffe takomawo ekka." }, { "english": "He got himself into danger.", "luganda": "Yeesanga ng'ali mu kizibu." }, { "english": "The children ran outside the house to welcome their father.", "luganda": "Abaana baafuluma mu nju nga badduuka okwaniriza kitaabwe." }, { "english": "The woman does not know the father of her child.", "luganda": "Omukazi tamanyi taata wa mwana we." }, { "english": "His leg suddenly got swollen.", "luganda": "Okugulu kwe kwazimba mbagirawo." }, { "english": "She tried to bleach in order to change her dark skin.", "luganda": "Yagezaako okweyerusa." }, { "english": "Some of the stories he told us were true.", "luganda": "Ebimu ku ebyo bye yatugamba byali bituufu." }, { "english": "His father taught him how to do carpentry work.", "luganda": "Kitaawe yamuyigiriza okubajja." }, { "english": "The journey was thirty kilometers long.", "luganda": "Olugendo lwali lwa kilomita amakumi asatu obuwanvu." }, { "english": "Some of the workers live on the farm.", "luganda": "Abamu ku bakozi babeera ku faamu." }, { "english": "He is very brave and adventurous.", "luganda": "Musajja muzira nnyo." }, { "english": "I bought a goat at three hundred thousand Ugandan shillings.", "luganda": "Embuzi nnagigula emitwalo amakumi asata mu za Uganda." }, { "english": "The herd of cattle lives next to the goats.", "luganda": "Ente ziri kumpi n'embuzi." }, { "english": "They have been friends since high school.", "luganda": "Babadde ba mukwano okuviira ddala mu ssekendule." }, { "english": "How did the couple manage to maintain their friendship over these years?", "luganda": "Abafumbo basobodde batya okukuuma omukwano gwabwe emyaka gino gyonna?" }, { "english": "She makes bracelets from beads.", "luganda": "Akola amajolobera okuva mu mbira." }, { "english": "My friend gifted me a bracelet.", "luganda": "Mukwano gwange yampa ekirabo kya majolobera." }, { "english": "What did you use to make these bracelets?", "luganda": "Wakozesa ki okukola amajolobera gano?" }, { "english": "He bought for his mother a silver bracelet.", "luganda": "Yagulira maama we amajolobera aga feeza." }, { "english": "The bracelet had a piece of red and blue wool.", "luganda": "Amajolobera gaalimu ebyoya by'endiga ebimmyuufu n'ebya bbulu." }, { "english": "Some people do not have friends.", "luganda": "Abantu abamu tebalina mikwano." }, { "english": "The friends are happy together.", "luganda": "Ab'emikwano baba basanyufu nga bali wamu." }, { "english": "Some people stole our cow in the night.", "luganda": "Waliwo abantu ababbye ente yaffe ekiro." }, { "english": "Only half of the cattle survived the disease.", "luganda": "Kimu kya kubiri eky'ente kyokka kye kyawonawo obulwadde." }, { "english": "The rest of her herd fell sick and died.", "luganda": "Ente ze endala zonna zaalwala ne ziffa." }, { "english": "We set off for the journey in the morning.", "luganda": "Twatandika olugendo ku makya." }, { "english": "My sister has a gap in between her teeth.", "luganda": "Mwannyinaze alina akazigo mu mannyo ge." }, { "english": "The cloth is one meter wide.", "luganda": "Olugoye luweza mita emu obugazi." }, { "english": "He has a wide chest.", "luganda": "Alina ekifuba kigazi." }, { "english": "People make wooden bridges to cross the wide trenches.", "luganda": "Abantu bakola olutindo lwa mbaawo okusobola okuyita ku luwonko olugazi." }, { "english": "The tree branches are long.", "luganda": "Amatabi g'omuti mawanvu." }, { "english": "She has long hair.", "luganda": "Alina enviiri mpanvu." }, { "english": "His legs are hurting because he walked a long distance.", "luganda": "Amagulu ge gamuluma kubanga yatambudde olugendo luwanvu." }, { "english": "People drink a lot of water on hot days.", "luganda": "Abantu bannywa amazzi mangi nnyo olunaku bwe luba nga lwa bbugumu." }, { "english": "There was no water on the tap.", "luganda": "Ku tapu tekwali mazzi." }, { "english": "What are some of the importances of rivers?", "luganda": "Egimu ku migaso gy'emigga gye giruwa?" }, { "english": "A surface with algae is usually slippery.", "luganda": "Awantu bwe wabeerawo enkonge waba waseerera." }, { "english": "He slipped and fell in the bathroom.", "luganda": "Yaseerera n'aggwa mu kinaabiro." }, { "english": "There was a huge crocodile at the surface of the water.", "luganda": "Ku mazzi kwaliko ggoonya munene." }, { "english": "It is good to scream while you're in danger.", "luganda": "Kiba kirungi okukuba enduulu ng'oli mu kabi." }, { "english": "The cows gave us a lot of meat.", "luganda": "Ente zaatuwa ennyama nnyingi nnyo." }, { "english": "She managed to catch the ball that he threw at her.", "luganda": "Yasobola okukwata omupiira gwe yamukanyugira." }, { "english": "The rope was made of pieces of colorful wool.", "luganda": "Omuguwa gwakolebwa mu byoya by'endiga ebirabika obulungi." }, { "english": "We used the rope to skip.", "luganda": "Omuguwa twagukozesa mu kubuuka." }, { "english": "The rope was used to tie the mattress.", "luganda": "Omuguwa gwakozesebwa okusiba omupaliso." }, { "english": "She was wearing a black long skirt.", "luganda": "Yali ayambadde sikaati mpaanvu nga nzirugavu." }, { "english": "We tied a rope in the cow's neck.", "luganda": "Omuguwa twagusiba mu bulago bw'ente." }, { "english": "Many banks have been opened up in Uganda.", "luganda": "Bbanka nnyingi zigguddwawo mu Uganda." }, { "english": "The best friends were overjoyed and hugged each other when they met.", "luganda": "Ab'emikwano ab'oku lusegere baabuugaana essanyu bwe baasisinkana era ne baanywegeragana." }, { "english": "We were curious to know what happened at the party.", "luganda": "Twali twagala nnyo okumanya ebyali ku kabaga." }, { "english": "He uses machines on his farm.", "luganda": "Akozesa byuuma ku faamu ye." }, { "english": "The dog that was chasing the boys bit one of them.", "luganda": "Embwa eyabadde egoba abalenzi yalumyeeko omu ku bo." }, { "english": "Running is a very good exercise for the body.", "luganda": "Okudduka dduyiro mulungi nnyo eri omubiri." }, { "english": "The farm is enclosed by the fence.", "luganda": "Faamu yeetoolooddwa ekikkomera." }, { "english": "I found very many missed phone calls from my mother.", "luganda": "Nnasanzeeko amasimu mangi maama ge yakubye." }, { "english": "The cattle were returned to the farm after grazing.", "luganda": "Ente zaakomezeddwawo mu faamu oluvannyuma lw'okuzirunda." }, { "english": "We had a reunion party at school", "luganda": "Twabadde n'akabaga ku ssomero." }, { "english": "The group of friends joined resources and started a charity organization.", "luganda": "Ab'emikwano beegatta wamu ne batandikawo ekibiina ky'obwannakyewa." }, { "english": "How long is the journey from here to town?", "luganda": "Olugendo lwenkana wa obuwanvu okuva wanno okutuuka mu tawuni?" }, { "english": "Her grandfather was once the chairman of the village.", "luganda": "Jjajjawe omusajja yaliko ssentebe w'ekyalo." }, { "english": "Mother sent her to fetch water from the well.", "luganda": "Maama yamutuma emmugga okukima amazzi." }, { "english": "She met some of her friends at the university.", "luganda": "Ku yunivasite yasangayo abamu ku mikwano gye." }, { "english": "People cut down trees to get firewood.", "luganda": "Abantu batema emiti okusobola okufuna enku." }, { "english": "He wanted to join us on the trip but he wasn't able to.", "luganda": "Yayagala okutwegattako ku lugendo naye teyasobola." }, { "english": "She patiently waited for God to answer her prayers.", "luganda": "Yalindirira Katonda n'obugumiikiriza addemu essaala ze." }, { "english": "I waited for him at the gate.", "luganda": "Nnamulindira ku geeti." }, { "english": "The forest land was gazetted by the government.", "luganda": "Gavumenti yalamba ettaka ly'ekibira." }, { "english": "She ran off to fetch water.", "luganda": "Yadduka okukima amazzi." }, { "english": "She cares for her friends a lot.", "luganda": "Afaayo nnyo ku mikwano gye." }, { "english": "Very few people use that path.", "luganda": "Bantu batono nnyo abakozesa akakubo ako." }, { "english": "The junction has routes leading to different directions.", "luganda": "Amasanganzira ago galiko amakubo agagenda mu bifo ebitali bimu." }, { "english": "She wondered which path the friends had taken.", "luganda": "Yeebuuza ekkubo mikwano gye lye baali bakutte." }, { "english": "We got lost because the driver used the wrong route.", "luganda": "Twabula kubanga omuvuzi w'emmotoka yakwata ekkubo ekyaamu." }, { "english": "She fell asleep on the bus.", "luganda": "Yeebakira mu bbaasi." }, { "english": "He woke up in the middle of the night to eat.", "luganda": "Yazuuku matumbibudde okulya." }, { "english": "People with sickle cells disease usually have yellowish eyes.", "luganda": "Abantu abalina obulwadde bwa nnalubiri batera okuba n'amaaso agakyenvu." }, { "english": "Most people are scared of going to hell after death.", "luganda": "Abantu abasinga obungi batya okugenda mu muliro ogutazikira nga bafudde." }, { "english": "Whenever I feel hungry I eat.", "luganda": "Buli enjala lw'ennuma ndya." }, { "english": "By the tone in her voice I could tell that she was angry.", "luganda": "Nnali nsobola okumanya nti anyiize okusinziira ku ddoboozi lye yali akozesa." }, { "english": "She is too proud to plead for anyone's help.", "luganda": "Alina amalala mangi tasobola kwegayirira muntu yenna kumuyamba." }, { "english": "He decided to plant eucalyptus trees on his bare piece of land.", "luganda": "Yasalawo okusimba emiti gya kalitunsi ku ttaka lye eritaaliko kintu kyonna." }, { "english": "The human body is made up of bones.", "luganda": "Omubiri gw'omuntu guliko amagumba." }, { "english": "She lay down and pretended to be asleep.", "luganda": "Yagalamira wansi ne yeefuula ng'eyeebase." }, { "english": "The children were whispering to each other in the dark.", "luganda": "Abaana baali bakubagana obwama mu nzikiza." }, { "english": "The people died from the smoke fire.", "luganda": "Abantu baafa omukka gw'omuliro." }, { "english": "Boiled water is safe for drinking.", "luganda": "Amazzi amafumbe gaba malungi okunnywa." }, { "english": "She brought her baby to church so that the pastor could pray for him.", "luganda": "Yaleeta omwana we omuwere ku kkanisa omusumba asobole okumusabira." }, { "english": "He dragged his wife out of the house.", "luganda": "Yasika mukazi we n'amufulumya mu nnyumba." }, { "english": "She likes eating rice with chicken.", "luganda": "Ayagala nnyo okulya omuceere n'ennyama." }, { "english": "There are rules that govern the people in the village.", "luganda": "Waliwo amateeka gafuga abantu mu kyalo." }, { "english": "When my father comes back home late he eats the food alone.", "luganda": "Taata wange bw'akomawo ekka nga buyise alya yekka emmere." }, { "english": "We had lunch together.", "luganda": "Twaliira wamu eky'emisana." }, { "english": "Her in-laws love her so much.", "luganda": "Bakodomi be bamwagala nnyo." }, { "english": "He picks his children from school every weekend.", "luganda": "Akima abaana be ku ssomero ku buli wiikendi." }, { "english": "My brother and sister are always arguing.", "luganda": "Muganda wange ne mwannyinaze batera okuwakana." }, { "english": "We sell most of the food crops from our garden.", "luganda": "Tutunda ebirime ebisinga obungi okuva mu nnimiro yaffe." }, { "english": "We all used different directions but reached the event at the same time.", "luganda": "Ffenna twakozesa amakubo ga njawulo naye twatuuka ku mukolo mu kiseera kye kimu." }, { "english": "Fire is very destructive.", "luganda": "Omuliro gusaanyaawo ebintu." }, { "english": "Why do some people snore while sleeping?", "luganda": "Lwaki abantu abamu bafuluuta nga beebase?" }, { "english": "The lady sat on the small stool and it broke.", "luganda": "Omukazi yatuula ku ka situulu akatono ne kamenyeka." }, { "english": "There is only one way to church.", "luganda": "Waliwo ekkubo limu lyokka erituuka ku kkanisa." }, { "english": "I would like to fly in an aeroplane.", "luganda": "Nnandyagadde okubuukira mu nnyonyi." }, { "english": "The witness says that he saw everything with his eyes.", "luganda": "Omujulizi yagamba nti buli kimu yakiraba n'amaaso ge." }, { "english": "How do you deal with disappointments in life?", "luganda": "Okwata otya ebintu ebimalamu amaanyi mu bulamu?" }, { "english": "It was too late for him to enroll in school.", "luganda": "Ebiseera byali bimuyiseeko okwewandiisa ku ssomero." }, { "english": "Having spent several years out of the country most people could not recognize her.", "luganda": "Olw'okuba yamala emyaka mingi nga tali mu ggwanga abantu abasinga obungi baali tebayinza kumutegeera." }, { "english": "Her father and mother ran out to meet her.", "luganda": "Kitaawe ne nnyina baadduka okumusisinkana." }, { "english": "The parents thanked God for saving their child from death.", "luganda": "Abazadde beebaza Katonda olw'okuwonya omwana waabwe okufa." }, { "english": "She quickly adjusted to the new environment.", "luganda": "Yamanyiira mangu ekitundu ekipya" }, { "english": "The children were playing on the swings.", "luganda": "Abaana baali bazannyira ku byesuubo." }, { "english": "She has beautiful chairs in her sitting room.", "luganda": "Alina entebe ezirabika obulungi mu ddiiro lye." }, { "english": "The nursery school has a variety of swings.", "luganda": "Essomero lya nasale lirina ebyesuubo ebitali bimu." }, { "english": "She fell off the swing.", "luganda": "Yagwa okuva ku kyesuubo." }, { "english": "The swing takes her forward and backward.", "luganda": "Ekyesuubo kimusuuba nga kimuzza mu maaso n'emmabega." }, { "english": "What do children enjoy about playing on the swings?", "luganda": "Kiki abaana kye banyumirwa bwe bazannyira ku byesuubo?" }, { "english": "There is snow at the top of the mountain.", "luganda": "Waliwo omuzira ku ntikko y'olusozi." }, { "english": "Most of the minerals are got from the ground.", "luganda": "Eby'obugagga eby'omu ttaka ebisinga obungi biggibwa wansi." }, { "english": "She was flying high up in the sky.", "luganda": "Yali abuukira waggulu mu bbanga." }, { "english": "He called out her name to see if she was home.", "luganda": "Yamuyita erinnya ng'ayagala okumanya obanga yaliyo ekka." }, { "english": "People take drugs in order to feel emotionally high.", "luganda": "Abantu bakozesa ebiragalalagala basobole okuba nga tebalina kutya kwonna." }, { "english": "When she was flying in the helicopter she could see the whole village from above.", "luganda": "Bwe yali mu nnamunkanga yali asobola okulaba ekyalo kyonna ng'ali mu bbanga." }, { "english": "The birds ate the maize grains from the corn.", "luganda": "Ebinnyonyi byalya empeke za kasooli." }, { "english": "We put a ladder for her to climb down from the tall building.", "luganda": "Twamuteerawo eddaala asobole okukkirako okuva ku kizimbe ekiwanvu." }, { "english": "The little children were fighting over the swing.", "luganda": "Abaana abato baali balwanira ekyesuubo." }, { "english": "She called me by my sister's name.", "luganda": "Yampita erinnya lya muganda wange." }, { "english": "There is no way she could stop the swing from moving.", "luganda": "Yali talina ngeri yonna yakuyimirizaamu ekyesuubo." }, { "english": "Up and down the children jumped and played at the bouncing castle.", "luganda": "Abaana baabuukanga nga bwe bazannyira ku kyesuubo." }, { "english": "He talked while shivering because he was frightened.", "luganda": "Yayogera akankana kubanga yali attidde." }, { "english": "With this advancement in technology some people have visited the moon.", "luganda": "Olw'okuba waliwo okukulaakulana mu tekinologiya abantu abamu baali bagenzeeko ku mwezi." }, { "english": "She fell off the motorcycle while it was still moving.", "luganda": "Yaggwa okuva ku pikipiki ng'ekyatambula." }, { "english": "We take the children to the park to play on the swings.", "luganda": "Tutwala abaana ku paaka okuzannyira ku byesuubo." }, { "english": "The building that was still under construction fell down.", "luganda": "Ekizimbe ekyali kikyazimbibwa kyaggwa wansi." }, { "english": "Her brother sympathized with her.", "luganda": "Mwannyina yamukwatira ekisa." }, { "english": "She fell on the rough ground and lost one of her teeth.", "luganda": "Yaggwa wansi awali awaggumu ennyo n'avaamu erinnyo limu." }, { "english": "My head has been hurting since morning.", "luganda": "Okuva ku makya omutwe gubadde gunnuma." }, { "english": "Crying is not a solution to your problems.", "luganda": "Okukaaba tekuyinza kugonjoola kizibu kyo." }, { "english": "The other children were not interested in the chess game.", "luganda": "Bali abaana abalala baali tebaagala muzannyo gwa chess." }, { "english": "He did not know how bed bugs looked like.", "luganda": "Yali tamanyi bikku bwe bifaanana." }, { "english": "She makes a lot of noise when crying.", "luganda": "Alekaana nnyo bw'aba akaaba." }, { "english": "Teachers watch over the children while at school.", "luganda": "Abasomesa balabirira abaana nga bali ku ssomero." }, { "english": "My mother is calling you.", "luganda": "Maama wange akuyita." }, { "english": "He fell off the swing and hurt his mouth.", "luganda": "Yaggwa okuva ku kyesuubo n'afuna ekisago ku mumwa." }, { "english": "Children who fall sick while at school are first taken to the sickbay.", "luganda": "Abaana abalwalira ku ssomero basooka kutwalibwa mu kifo awakuumirwa abalwadde." }, { "english": "The monkeys were swinging from one tree branch to another.", "luganda": "Enkima zaali zeesuuba okuva ku ttabi erimu ery'omuti okudda ku ttabi eddala." }, { "english": "The priest asked the bridegroom to kiss the bride.", "luganda": "Omubuulizi yasaba omuggole omusajja okunywegera omuggole omukazi." }, { "english": "He performed better than his elder sister.", "luganda": "Yakola bulungi okusinga mwannyina omukulu." }, { "english": "Avoid walking alone at night.", "luganda": "Weewale okutambula wekka ekiro." }, { "english": "She wants to go to the moon.", "luganda": "Ayagala kugenda ku mwezi." }, { "english": "Adults should watch over the children while they are playing on the swings.", "luganda": "Abantu abakulu balina okulabirira abaana nga bazannyira ku byesuubo." }, { "english": "Who was the first man to go to the moon?", "luganda": "Musajja ki eyasooka okugenda ku mwezi?" }, { "english": "How do you distinguish fake products from the original ones?", "luganda": "Oyawula otya ebintu ebigingirire ku ebyo ebituufu?" }, { "english": "People can now shop online using the internet.", "luganda": "Kati abantu ebintu basobola okubigulira ku mikutu gya yintaneeti." }, { "english": "There is a lot of information available on the internet.", "luganda": "Ku yintaneeti kuliko ebintu bingi." }, { "english": "I started up a piggery project last year.", "luganda": "Omwaka oguwedde nnatandika pulojeekiti ey'okulunda embizzi." }, { "english": "Some cows have long horns while others have short ones.", "luganda": "Ente ezimu zirina amayembe amawanvu ate endala zirina mmampi." }, { "english": "Besides her parents no one else knew her right age.", "luganda": "Ng'oggyeko bazadde be tewali muntu mulala yali amanyi emyaka gye emituufu." }, { "english": "Pigs do not have horns.", "luganda": "Embizzi tezirina mayembe." }, { "english": "He did not report to work yesterday.", "luganda": "Jjo teyagenda ku mulimu." }, { "english": "Candles are made of wax.", "luganda": "Emisubaawo gikolebwa mu nvumbo." }, { "english": "The party will take place on Saturday.", "luganda": "Akabaga kajja kubaawo ku Lwamukaaga." }, { "english": "Why do some livestock farmers dehorn their cattle?", "luganda": "Lwaki abalunzi b'ente abamu basalako amayembe g'ente zaabwe?" }, { "english": "Cows goats and sheep are examples of domestic animals with horns.", "luganda": "Ente embuzi n'endiga bye bimu ku bisolo ebirina amayembe." }, { "english": "Animals use their horns for defense purposes.", "luganda": "Ebisolo bikozesa amayembe gaabyo mu kwetaasa." }, { "english": "People say that pigs are dirty animals.", "luganda": "Abantu bagamba nti embizzi bisolo bikyaafu." }, { "english": "Darkness cannot drive out darkness.", "luganda": "Ekizikiza tekisobola kuggyawo kizikiza." }, { "english": "There are various breeds of pigs in Uganda.", "luganda": "Mu Uganda mulimu ebikka by'embizzi ebitali bimu." }, { "english": "Dogs usually have a wet nose.", "luganda": "Ennyindo z'embwa zitera kuba nga zitobye." }, { "english": "Pigs are commonly reared for commercial purposes.", "luganda": "Embizzi zitera kulundibwa okusobola okufunamu ssente." }, { "english": "We hold a party every new year's eve.", "luganda": "Ku buli ntandikwa y'omwaka tuba n'akabaga." }, { "english": "The people who attended the party ate and danced the whole night.", "luganda": "Abantu abaali ku kabaga baalya era ne bazina ekiro kyonna." }, { "english": "Seeing her children happy makes her happy too.", "luganda": "Bw'alaba abaana be nga basanyufu naye aba musanyufu." }, { "english": "The pig uses the snout to search for food.", "luganda": "Embizzi ekozesa ennyindo zaayo okunoonya emmere." }, { "english": "Do we have any zebras in Uganda?", "luganda": "Tulina entulege mu Uganda?" }, { "english": "The performers sang a folk song after the drama play.", "luganda": "Abayimbi baayimba oluyimba lw'obuwangwa oluvannyuma lw'okuzannya omuzannyo." }, { "english": "The clever students understand faster than the rest during the lesson.", "luganda": "Abaana abagezi bategeera mangu okusinga abalala nga basoma." }, { "english": "Rabbits are small animals.", "luganda": "Obumyu bubeera busolo botono." }, { "english": "Animals also have families.", "luganda": "Ebisolo nabyo biba n'engaanda." }, { "english": "She talks and dreams big.", "luganda": "Ayogera era alowooza ku bintu ebikulu." }, { "english": "Why do people visit others?", "luganda": "Lwaki abantu bakyalira abalala?" }, { "english": "I sleep with my sister in the same bedroom.", "luganda": "Nsula ne muganda wange mu kisenge kye kimu." }, { "english": "He wants to use machines to help him plough the garden.", "luganda": "Ayagala kukozesa byuma okulima mu nnimiro ye." }, { "english": "We went to the shopping mall to buy baby clothes.", "luganda": "Twagenda mu dduuka okugula engoye z'omwana." }, { "english": "Most of her guests are going to sleep over at our house.", "luganda": "Abagenyi be abasinga obungi bagenda kusula mu nnyumba yaffe." }, { "english": "No one cared about the mad man in our village.", "luganda": "Tewali n'omu yafaayo ku musajja omulalu mu kyalo kyaffe." }, { "english": "Factories can save energy.", "luganda": "Amakolero gasobola okukkeekereza amasanyalaze." }, { "english": "The youngest of the triplets is taller than the rest.", "luganda": "Omuto ku baana abasatu abaazaalibwa omulundi ogumu muwanvu okusinga banne." }, { "english": "When we were young our parents used to make decisions on our behalf.", "luganda": "Bwe twali tukyali bato bazadde baffe baatusalirangawo." }, { "english": "The squirrels birds and caterpillars are some of the pests that attack crops.", "luganda": "Obukolwa ebinnyonyi n'ebisaanyi bye bimu ku bintu ebirumba ebirime byaffe." }, { "english": "Caterpillars are commonly found on leaves and trees.", "luganda": "Ebisaanyi bitera kusangibwa ku bikoola ne ku miti." }, { "english": "We used flowers to decorate the place.", "luganda": "Twakozesa ebimmuli okuttimba ekifo." }, { "english": "The mice ate some of our clothes.", "luganda": "Emmese yaluma ezimu ku ngoye zaffe." }, { "english": "There were many mosquitoes breeding in the bush.", "luganda": "Ensiri zaali nnyingi nnyo mu nsiko." }, { "english": "There are many insects in the soil.", "luganda": "Mu ttaka mulimu ebiwuka bingi." }, { "english": "He looked for his coin and found it.", "luganda": "Yanoonya koyini ye n'agiralaba." }, { "english": "She wept over the death of her dog.", "luganda": "Yakaabira okufa kw'embwa ye." }, { "english": "Children are usually more free and open with their mothers.", "luganda": "Abaana batera okweyabiza ba maama baabwe." }, { "english": "He cleared his throat before giving his speech.", "luganda": "Yaggoggola obulago bwe nga tannatandika kwogera." }, { "english": "Birds do not have teeth.", "luganda": "Ebinnyonyi tebirina mannyo." }, { "english": "We hit the snake with a stone on the head and killed it.", "luganda": "Omusota twagukuba ku mutwe n'amayinja ne tugutta." }, { "english": "Everyone thought that his idea would work but it did not.", "luganda": "Buli omu yali alowooza nti ekirowoozo kye kyandikoze naye si bwe kyali." }, { "english": "We do not have underground trains in Uganda.", "luganda": "Mu Uganda tetulinamu ggali za mukka eziyita wansi." }, { "english": "He stumbled and fell on the stone.", "luganda": "Yeekoona n'aggwa ku jjinja." }, { "english": "She referred to him as a Mister because she did not know his name.", "luganda": "Yamuyita masita kubanga yali tamanyi linnya lye." }, { "english": "We believe that life is a blessing from God.", "luganda": "Tukikkiriza nti obulamu kirabo okuva eri Katonda." }, { "english": "It is good to get to know our distant relatives.", "luganda": "Kiba kirungi okumanya eb'engaanda zaffe ab'ewala." }, { "english": "Some people have created artificial ponds for rearing fish.", "luganda": "Abantu abamu bakoze ebidiba eby'okulundiramu ebyennyanja." }, { "english": "He used to be a clever boy in his primary school.", "luganda": "Yalinga mulenzi mugezi bwe yali ekyali mu pulayimale." }, { "english": "Original products are expensive.", "luganda": "Ebintu ebitali bigingirire bigula ssente nnyingi." }, { "english": "The pupils wrote the notes in their class books.", "luganda": "Abaana bawandiika mu bitabo byabwe ebyo bye baasoma mu kibiina." }, { "english": "He always leaves his bedroom locked.", "luganda": "Atera okuleka ekisenge kye nga kisibe." }, { "english": "Old people have a lot of stories to tell because they have seen a lot.", "luganda": "Abantu abakulu balina bingi eby'okwogerako kubanga balabye ebintu bingi." }, { "english": "We asked our rich uncle to pay for us our school fees for next term.", "luganda": "Twasaba kojja waffe omugagga atuweereyo ebisale by'essomero ebya taamu eddako." }, { "english": "What threads do tailors use?", "luganda": "Wuuzi za ngeri ki abantunzi ze bakozesa?" }, { "english": "The teacher told her to write a story about the prince and the princess.", "luganda": "Omusomesa yamugamba okubaako by'awandiika ebikwata ku mulangira n'omumbejja." }, { "english": "The poor man cannot afford to buy expensive things.", "luganda": "Omusajja omwavu talina busobozi bwa kugula ebintu eby'ebbeeyi." }, { "english": "He was unable to pay his bills last month.", "luganda": "Omwezi oguwedde teyasobola kusasula bbiru ze." }, { "english": "How much do the storybooks cost?", "luganda": "Ebitabo ebirimu ebyafaayo bigula ssente mmekka?" }, { "english": "The lion is a fierce animal.", "luganda": "Empologoma nsolo nkambwe nnyo." }, { "english": "Snakes have poisonous teeth.", "luganda": "Emisota girina amannyo ag'obusagwa." }, { "english": "People feel safe when the country is politically stable.", "luganda": "Abantu bawulira obukuumi eggwanga bwe liba nga litebenkedde." }, { "english": "The glue was very sticky.", "luganda": "Amasanda gaali gakwata nnyo." }, { "english": "What are your future plans?", "luganda": "Olina nteekateeka ki ez'ebiseera eby'omu maaso?" }, { "english": "He dug a deep hole.", "luganda": "Yasima ekinnya ekiwanvu." }, { "english": "He went home for supper.", "luganda": "Yaddayo ekka okulya ekyeggulo." }, { "english": "Why do people hunt wild animals?", "luganda": "Lwaki abantu bayigga ebisolo by'omu nsiko?" }, { "english": "He scratched his skin because it was itching.", "luganda": "Yeetakula ku lususu kubanga lwali lumusiiwa." }, { "english": "Help others if you can afford to do so.", "luganda": "Yamba abalala bw'oba olina obusobozi okukikola." }, { "english": "We should avoid physical contact to reduce the spread of coronavirus.", "luganda": "Tulina okwewala okusemberera abalala okusobola okukendeeza ku kusaasaana kw'ekirwadde kya korona." }, { "english": "The police are trying to trace the person who stole my phone.", "luganda": "Poliisi egezaako okunoonyereza omuntu eyabba essimu yange." }, { "english": "Whoever needs the manager should sit in the waiting room.", "luganda": "Buli eyeetaaga manejja alina okutuula mu kisenge abegenyi we balindira." }, { "english": "The doctor needs a medical student to help him at the hospital.", "luganda": "Ddokita yeetaaga omuyizi asomerera obusawo okumuyambako mu ddwaliro." }, { "english": "The available coronavirus vaccines are not enough for everyone in the country.", "luganda": "Eddagala eririwo erigema ekirwadde kya korona terimala buli muntu yenna mu ggwanga." }, { "english": "He speaks more than twenty languages.", "luganda": "Ayogera ennimi ezisukka mu amakumi abiri." }, { "english": "The scholarship is only for those students with a first-class degree.", "luganda": "Sikaala ya bayizi abo bokka abalina ddiiguli eri ku mutendera ogusooka." }, { "english": "That is why I agree with your mother's decision.", "luganda": "Eyo ye nsonga lwaki nzikkiriziganya n'okusalawo kwa maama wo." }, { "english": "The total number of coronavirus deaths in the world is beyond four million people.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu abafudde ekirwadde kya korona mu nsi yonna gusukka mu bukadde obuna." }, { "english": "India is one of the countries with the highest number of coronavirus patients.", "luganda": "Buyindi y'emu ku nsi ezisinga okubaamu abalwadde b'ekirwadde kya korona." }, { "english": "We should follow the standard operating procedures to reduce the spread of coronavirus.", "luganda": "Tulina okugoberera obulagirizi obwatuweebwa okusobola okukendeeza ku kusaasaana kw'ekirwadde kya korona." }, { "english": "The government plans to immunize everyone in the country.", "luganda": "Gavumenti eteekateeka kugema buli muntu yenna mu ggwanga." }, { "english": "We are preparing lunch.", "luganda": "Tuteekateeka eky'emisana." }, { "english": "The president thanked the doctors who are treating the coronavirus patients.", "luganda": "Pulezidenti yeebaza abasawo abajjanjaba abalwadde b'ekirwadde kya korona." }, { "english": "The government plans to increase science teachers' salaries.", "luganda": "Gavumenti eteekateeka kwongeza ku musaala gw'abasomesa ba sayansi." }, { "english": "The Ministry of Health recruited more frontline health workers to help in the fight against coronavirus.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulamu kyawandiika abasawo abalala okuyambako mu kulwanyisa ekirwadde kya korona." }, { "english": "He could not go to his office because he was not feeling well.", "luganda": "Teyasobola kugenda mu ofiisi ye kubanga yali teyeewulira bulungi." }, { "english": "He has an application on his phone that tracks stolen phones.", "luganda": "Alina appu ku ssimu ye enoonya essimu eziba zibbiddwa." }, { "english": "Land in the city is expensive compared to the land in the rural areas.", "luganda": "Ettaka mu kibuga lya buseere bw'ogeraageranya n'ettaka ly'omu bitundu eby'omu byalo." }, { "english": "We have reached our destination.", "luganda": "Tutuuse gye tulaga." }, { "english": "He was the first Ugandan to win an Olympic gold medal.", "luganda": "Ye Munnayuganda eyasooka okuwangula omudaali ogwa zzaabu mu mpaka za Olimpiki." }, { "english": "You need to be precise when presenting to us your project idea.", "luganda": "Olina okuba omulabulukufu obulungi ng'otubuulira ebirowoozo ebikwata ku pulojeekiti yo." }, { "english": "There is a shortage of land for settlement in Kampala city.", "luganda": "Ettaka ery'okubeeramu mu kibuga Kampala lya kkekwa." }, { "english": "The problem is that she does not want to talk to us.", "luganda": "Ekizibu kiri nti tayagala kwogera naffe." }, { "english": "He was selected to represent the whole University in the debate competition.", "luganda": "Yalondebwa okukiikirira yunivasite yonna mu mpaka z'okukubaganya ebirowoozo." }, { "english": "The headmaster says that students convicted of violent acts will be expelled.", "luganda": "Omukulu w'essomero yagamba nti abayizi abaasingisibwa omusango gw'okwenyigira mu bikolwa eby'obukambwe bajja kugobebwa." }, { "english": "She is expected to win the chess game.", "luganda": "Asuubirwa okuwangula omuzannyo gwa chess." }, { "english": "Two rival netball teams are playing against each other.", "luganda": "Ttiimu ebbiri ez'omupiira gw'okubaka ezitalima kambugu zizannya." }, { "english": "I thought you married the other Muslim girl.", "luganda": "Mbadde ndowooza nti wawasa omuwala oli Omusiraamu." }, { "english": "We toured the Uganda Martyrs Catholic Shrine in Namugongo.", "luganda": "Twalambula ekiggwa ky'abajulizi abakatoliki e Namugongo." }, { "english": "We won the schools' cricket competition last year.", "luganda": "Twawangula empaka z'essomero eza cricket omwaka oguwedde." }, { "english": "Some people earn money from football.", "luganda": "Abantu abamu bafuna ssente mu mupiira gw'ebigere." }, { "english": "My football team has reached the semifinals.", "luganda": "Ttiimu yange ey'omupiira gw'ebigere ettuuse ku mutendera oguddirira ogw'akamalirizo." }, { "english": "New Zealand has won the rugby world cup five times in a row.", "luganda": "New Zealand ewangudde ekikopo ky'ensi yonna eky'omuzannyo gwa ragibe emirundi ettaano egy'omuddiringaanwa." }, { "english": "The cricket team from Uganda lost their World Cup qualifier against Namibia.", "luganda": "Namibia yawangudde ttiimu y'omuzannyo gwa cricket okuva mu Uganda mu mpaka ez'okusunsulamu abannazannya ogw'ensi yonna." }, { "english": "Uganda has never qualified for the World Cup finals.", "luganda": "Uganda teyitangamu kuzannya ogw'akamalirizo mu kikopo ky'ensi yonna." }, { "english": "He got a red card during the match.", "luganda": "Yafuna kaadi emmyufu mu muzannyo." }, { "english": "My friend was involved in a car accident on Jinja road yesterday.", "luganda": "Mukwano gwange jjo yafunye akabenje k'emmotoka ku lugguddo lw'e Jjinja." }, { "english": "He is Uganda's best football player.", "luganda": "Ye Munnayuganda asinga okuzannyi omupiira gw'ebigere." }, { "english": "My uncle is trying to convince me to get married to one of his rich friends.", "luganda": "Kojja wange agezaako okummatiza nfumbirwe omu ku mikwano gye omugagga." }, { "english": "I did not see much of his work but I believe it was good.", "luganda": "Ebisinga obungi bye yakola ssabiraba naye nkakasa byali birungi." }, { "english": "He played cricket for ten years.", "luganda": "Yazannya omuzannyo gwa cricket okumala emyaka kkumi." }, { "english": "I will resume reading this book later in the evening.", "luganda": "Nja kuddamu okusoma ekitabo kino edda akawungeezi." }, { "english": "He started playing the cricket game while in primary school.", "luganda": "Yatandika okuzannya omuzannyo gwa cricket ng'akyali mu ssomero lya pulayimale." }, { "english": "Most people retire at the age of sixty five.", "luganda": "Abantu abasinga obungi bawummulira ku myaka nkaaga mu ettaano." }, { "english": "He has reached his retirement age but does not want to leave the job.", "luganda": "Attuuse ku myaka gye egy'okuwummula naye tayagala kuleka mulimu." }, { "english": "She is the happiest person I have ever seen in my life.", "luganda": "Ye muntu asingayo okuba omusanyufu gwe nnali ndabye mu bulamu bwange." }, { "english": "That sports tutor trains basketball at our school.", "luganda": "Oyo omusomesa w'eby'emizannyo asomesa omupiira gw'ensero mu ssomero lyaffe." }, { "english": "It is rare to find a father raising his children by himself.", "luganda": "Ssi kya bulijjo okusanga taata ng'akuza abaana be yekka." }, { "english": "The two brothers played football for the school team.", "luganda": "Ab'oluganda ababiri baazannyiranga mu ttiimu y'essomero ey'omupiira gw'ebigere." }, { "english": "The couple courted for six months before getting married.", "luganda": "Abafumbo abo baakwanagana okumala emyezi mukaaga nga tebannafumbiriganwa." }, { "english": "She was the most talented netball player on our team.", "luganda": "Ye yali asinga okuzannya obulungi omupiira gw'okubaka mu ttiimu yaffe." }, { "english": "The company where I did my second internship relocated to Ntinda.", "luganda": "Kampuni gye nnakolera okwegezaamu omulundi ogw'okubiri yadda Ntinda." }, { "english": "I will wait for him until he comes home.", "luganda": "Njakumulinda okutuusa lw'annadda ekka." }, { "english": "She lied to me that she is already employed.", "luganda": "Yannimba nti akola." }, { "english": "You need to tell your wife the truth.", "luganda": "Mukyalawo olina okumubuulira amazima." }, { "english": "He signed a new contract with his team.", "luganda": "Yassa omukono ku kontulakita empya gye yakola ne ttiimu ye." }, { "english": "Actions speak louder than words.", "luganda": "Ebikolwa byogerera waggulu okusinga ebigambo." }, { "english": "All my brothers play basketball.", "luganda": "Baganda bange bonna bazannya omuzannyo gw'ensero." }, { "english": "My brother is in the surgical ward.", "luganda": "Muganda wange ali mu waadi erongoosa." }, { "english": "We should remain calm and keep the situation under control.", "luganda": "Tulina okusigala nga tuli bakkakkamu n'okukuuma embeera ereme kusajjuka." }, { "english": "He was good at Geography while in school.", "luganda": "Yali akola bulungi essomo erikwata ku kikula ky'ensi ng'akyali ku ssomero." }, { "english": "Those rich men studied from the same school.", "luganda": "Abasajja abo abagagga baasomera mu ssomero lye limu." }, { "english": "The electricity expenses at home have been high this month.", "luganda": "Ensaasaanya ku masanyalaze omwezi guno ekka ebadde waggulu nnyo." }, { "english": "They qualified to play at next year's netball World Cup.", "luganda": "Baayitabo okuzannya omupiira gw'okubaka ogw'Ensi Yonna omwaka ogujja." }, { "english": "Our school won the football championship last year.", "luganda": "Essomero lyaffe lyawangula empaka z'omupiira gw'ebigere eza bannantammeggwa omwaka oguwedde." }, { "english": "Due to the strict lockdown measures many people in Uganda were not able to move to the villages.", "luganda": "Abantu bangi mu Uganda tebaasobola kugenda mu byalo olw'amateeka amakkakali agakwata ku muggalo." }, { "english": "He had to give up his basketball career after getting an accident.", "luganda": "Yalina okwabulira omulimu gwe ogw'okuzannya omupiira gw'ensero bwe yafuna akabenje." }, { "english": "His brother is a pastor.", "luganda": "Muganda we musumba." }, { "english": "He signed and sealed the document.", "luganda": "Ekiwandiiko yakissaako omukono era n'akisiba." }, { "english": "He shifted his focus away from the football game to his job.", "luganda": "Ebirowoozo bye yabiggya ku muzannyo gw'omupiira gw'ebigere n'abissa ku mulimu gwe." }, { "english": "Listening to music is a form of entertainment.", "luganda": "Okuwuliriza ennyimba kuba kwesanyusaamu." }, { "english": "She was dissatisfied with the job.", "luganda": "Teyali mumativu na mulimu." }, { "english": "I do not want my children to sit behind in the classroom.", "luganda": "Ssagala baana bange kutuula mabega mu kibiina." }, { "english": "He was elected as the president of the Uganda Basketball Association.", "luganda": "Yalondebwa okuba pulezidenti w'ekibiina ky'abazannyi b'omupiira gw'ensero mu Uganda." }, { "english": "He joined the health club this year.", "luganda": "Yeegatta ku kiraabu y'eby'obulamu omwaka guno." }, { "english": "She used to be among the top ten best performers in her class.", "luganda": "Yalinga ku bantu kkumi mu kibiina abaali basinga okukola obulungi." }, { "english": "She gave out all her clothes to the orphans in her village.", "luganda": "Engoye ze zonna yaziwa bamulekwa mu kyalo kye." }, { "english": "He was voted the most valuable player during the tournament.", "luganda": "Yalondebwa okuba omuzannyi asinga okuba ow'omuwendo mu mpaka." }, { "english": "Many albinos are discriminated in various communities.", "luganda": "Bannamagoye bangi baboolebwa mu bitundu ebitali bimu." }, { "english": "The former prime minister of Kenya is contesting for the presidency.", "luganda": "Eyaliko ssabaminisita wa Kenya avuganya ku kifo ky'obwa pulezidenti." }, { "english": "My brother has done a lot for our family.", "luganda": "Maama wange alina bingi by'akoledde amaka gaffe." }, { "english": "He is constructing a new house for his mother in the village.", "luganda": "Azimbira nnyina ennyumba empya mu kyalo." }, { "english": "The president of Guinea was overthrown.", "luganda": "Pulezidenti wa Guinea yammaamulwako." }, { "english": "My elder brother is a priest.", "luganda": "Muganda wange omukulu mubuulizi." }, { "english": "He stopped playing for the Uganda national football team.", "luganda": "Yalekera awo okuzannyira mu ttiimu y'omupiira gw'ebigere eya Uganda." }, { "english": "He got a scholarship to study in Canada.", "luganda": "Yafuna sikaala okusomera mu Canada." }, { "english": "I was part of the school rugby team while in high school.", "luganda": "Bwe nnali mu sekendule nnali mu ttiimu y'omuzannyo gwa lagibe." }, { "english": "She gave birth on her way to the hospital.", "luganda": "Yazaalira ku kkubo ng'agenda mu ddwaliro." }, { "english": "Only the first three competitors received awards.", "luganda": "Abasatu abasooka bokka be baafuna awaadi." }, { "english": "Senegal won the African basketball championships held in Rwanda.", "luganda": "Senegal yawangula empaka z'omupiira gw'ensero ogwa Afirika ezaali e Rwanda." }, { "english": "The rebel leader was arrested.", "luganda": "Omukulembeze w'abayeekera yakwatibwa." }, { "english": "I do not think he will come back here again.", "luganda": "Sirowooza nti annaddayo okujja wano." }, { "english": "I do not trust his words anymore.", "luganda": "Ssikyesiga bigambo bye." }, { "english": "The former president of America wanted to construct a wall around the country.", "luganda": "Eyaliko pulezidenti wa America yali ayagala kuzimba ekisenge okwetooloola eggwanga lye." }, { "english": "He works as a journalist with the national television station.", "luganda": "Akola nga munnamawulire ku ttivi y'eggwanga." }, { "english": "She was arrested as she tried to cross the border to Kenya.", "luganda": "Yakwatibwa bwe yali agezaako okusala ensalo okugenda e Kenya." }, { "english": "That telecommunication company plans to leave Uganda.", "luganda": "Kampuni y'amassimu eyo eteekateeka kuva mu Uganda." }, { "english": "Some young people are involved in gambling.", "luganda": "Abavubuka abamu beenyigidde mu kukuba zzaala." }, { "english": "The building collapsed and killed his parents.", "luganda": "Ekizimbe kyaggwa ne kitta bazadde be." }, { "english": "It has started raining.", "luganda": "Enkuba etandise okutonnya." }, { "english": "Several people were told to leave that land.", "luganda": "Abantu abawerako baabagamba okuva ku ttaka." }, { "english": "He has gone for a meeting in Ethiopia.", "luganda": "Agenze mu lukungaana mu Ethiopia." }, { "english": "We are going to survey the land.", "luganda": "Tugenda kupima ettaka." }, { "english": "The war in Somalia has not yet ended.", "luganda": "Olutalo lw'omu Somalia terunnaggwa" }, { "english": "Kenya received heavy rains last month.", "luganda": "Enkuba yatonnya nnyo mu Kenya omwezi oguwedde." }, { "english": "She has some relatives in Tanzania.", "luganda": "Alina ab'enganda mu Tanzania." }, { "english": "He was knocked by a speeding car.", "luganda": "Emmotoka eyali eweenyuuka emisinde yamutomera." }, { "english": "The World Bank has given another loan to Uganda.", "luganda": "Bbanka y'ensi yonna ewoze Uganda ssente endala." }, { "english": "Why do you use fertilizers in your garden?", "luganda": "Lwaki okozesa ebigimusa mu nnimiro yo?" }, { "english": "How many months are left for the year to end?", "luganda": "Omwaka gusigaddeko emyezi emeka?" }, { "english": "That village was attacked by locusts last year.", "luganda": "Ekyalo ekyo kyalumbibwa enzige omwaka oguwedde." }, { "english": "How many people are in Uganda currently?", "luganda": "Kati Uganda erimu abantu bameka?" }, { "english": "There is a lot of noise coming from your room.", "luganda": "Amaloboozi agaleekaana ennyo gava mu kisenge kyo." }, { "english": "Have you been to Kenya before?", "luganda": "Wali ogenzeeko e Kenya?" }, { "english": "Some people still struggle to have two meals a day.", "luganda": "Abantu abamu kikyabazibuwalira okulya emirundi ebiri olunaku." }, { "english": "The maize was eaten by the locusts.", "luganda": "Kasooli yaliibwa enzige." }, { "english": "Do you have food at your place?", "luganda": "Olina emmere ewuwo?" }, { "english": "He no longer runs every morning.", "luganda": "Takyadduka buli ku makya." }, { "english": "The chairman of this village is so kind.", "luganda": "Ssentebe w'ekyalo kino wa kisa nnyo." }, { "english": "She was attacked by armed robbers last night.", "luganda": "Ababbi baamulumbye ekiro ekikeesezza olwaleero nga balina emmundu." }, { "english": "The pastoralists have greatly been affected by the drought.", "luganda": "Abalunzi bakoseddwa nnyo ekyeya." }, { "english": "There is little water in the tank.", "luganda": "Amazzi matono mu ttanka." }, { "english": "The majority of the people are still struggling to get vaccinated.", "luganda": "Abantu abasinga obungi bakyakisanze nga kizibu okugemwa." }, { "english": "I am too hungry to think.", "luganda": "Enjala ennuma nnyo sisobola kulowooza." }, { "english": "When is the wedding?", "luganda": "Embaga ya ddi?" }, { "english": "This story is not making sense.", "luganda": "Ebyogerwa tebikola makulu." }, { "english": "Why are you scared?", "luganda": "Lwaki otidde?" }, { "english": "Several farmers will be affected by the drop in maize prices.", "luganda": "Abalimi abawerako bajja kukosebwa okugwa kw'ebbeeyi ya kasooli." }, { "english": "This weather is not favorable for planting beans.", "luganda": "Embeera y'obudde eno si nnungi kusimbiramu bijanjaalo." }, { "english": "He has called for an ambulance.", "luganda": "Atumizza ambyulensi." }, { "english": "She gave birth to immature babies.", "luganda": "Yazaala abaana nga tebatuuse." }, { "english": "Do you know his real name?", "luganda": "Omanyi amannya ge amatuufu?" }, { "english": "This is my first child.", "luganda": "Ono ye mwana wange omubereberye." }, { "english": "The examination has started.", "luganda": "Ekigezo kitandise." }, { "english": "His wife is sick.", "luganda": "Mukyala we mulwadde." }, { "english": "Have you talked to your brother?", "luganda": "Oyogeddeko ne muganda wo?" }, { "english": "I was called for a job interview.", "luganda": "Nnayitiddwa okukola yintaviyu y'omulimu." }, { "english": "I will go to the chairperson tomorrow morning.", "luganda": "Nja kugenda ewa ssentebe enkya ku makya." }, { "english": "You have a strong woman.", "luganda": "Mukyala wo mugumu." }, { "english": "I left the baby sleeping.", "luganda": "Omwana nnamulese yeebase." }, { "english": "This is not good news.", "luganda": "Amawulire ago si malungi." }, { "english": "She has spent three weeks in the intensive care unit.", "luganda": "Amaze wiiki ssatu ng'ajjanjabirwa gye bajjanjabira abalwadde abayi." }, { "english": "Seventy five people were struck by lightning in Congo.", "luganda": "Abantu nsanvu mu bataano baakubiddwa laddu mu Congo." }, { "english": "Her wife is a nurse.", "luganda": "Mukyala we musawo." }, { "english": "He is dressed in a white shirt.", "luganda": "Ayambadde ssaati njeru." }, { "english": "Someone left the door open.", "luganda": "Waliwo eyalese oluggi nga luggule." }, { "english": "The attention has been focused on treating coronavirus.", "luganda": "Essira lissiddwa ku kujjanjaba obulwadde bwa corona." }, { "english": "The ambulance arrived very late.", "luganda": "Ambyulensi yatuuse kikeerezi." }, { "english": "Those men were fighting for a bottle of water.", "luganda": "Abasajja abo baabadde balwanira kacupa ka mazzi ." }, { "english": "The car does not have fuel.", "luganda": "Emmotoka teriimu mafuta." }, { "english": "How much do you pay for rent?", "luganda": "Ennyumba gy'opangisa ogisasula mmeka?" }, { "english": "The shopkeeper has arrived.", "luganda": "Atunda mu dduuka atuuse." }, { "english": "The nurses are few at this hospital.", "luganda": "Eddwaliro lino lirina abasawo batono." }, { "english": "Will your friend be able to help us?", "luganda": "Mukwano gwo anaasobola okutuyamba?" }, { "english": "We cannot extend the meeting to a later date.", "luganda": "Tetusobola kwongezaayo lukungaana kulussa ku lunaku lulala." }, { "english": "The teacher did not teach us this topic.", "luganda": "Kino omusomesa teyakitusomesa." }, { "english": "He has taken his son to school.", "luganda": "Atutte mutabani we ku ssomero." }, { "english": "This information is scary.", "luganda": "Ebintu bino bitiisa." }, { "english": "He works with the World Health Organization.", "luganda": "Akolera mu kitongole ky'eby'obulamu eky'ensi yonna." }, { "english": "You won't lose your son.", "luganda": "Mutabani wo tajja kufa." }, { "english": "It is too cold out there.", "luganda": "Obunnyogovu bungi wabweru." }, { "english": "The baby is crying.", "luganda": "Omwana akaaba." }, { "english": "The team that he supports lost the game.", "luganda": "Ttiimu gy'awagira baagikubye." }, { "english": "His uncle has been put on a life support machine.", "luganda": "Kojja we asiza ku byuma." }, { "english": "I want to get insurance coverage for my child.", "luganda": "Njagala kufunira mwana wange yinsuwa." }, { "english": "She gave birth to a baby girl.", "luganda": "Yazadde mwana muwala." }, { "english": "The nurse talks rudely to the patients.", "luganda": "Omusawo ayogera bubi n'abalwadde." }, { "english": "He took his wife to her mother after giving birth.", "luganda": "Mukyala we bwe yamala okuzaala yamutwala wa maama we." }, { "english": "How many cars do you have?", "luganda": "Olina emmotoka mmeka?" }, { "english": "He spends one million Ugandan shillings daily on hospital bills.", "luganda": "Buli lunaku asaasaanya akakadde kamu mu ddwaliro." }, { "english": "These trousers don't fit me properly.", "luganda": "Empale ye tentuuka bulungi." }, { "english": "The doctor has not yet arrived.", "luganda": "Omusawo tannatuuka." }, { "english": "How will you raise all this money?", "luganda": "Onoggya wa ssente ezo zonna?" }, { "english": "My baby is sick.", "luganda": "Omwana wange mulwadde." }, { "english": "Do you know how to drive a car?", "luganda": "Omanyi okuvuga emmotoka?" }, { "english": "Where is the document that I gave you yesterday?", "luganda": "Ekiwandiiko kye nnakuwadde jjo kiruwa?" }, { "english": "He is the oldest man in this village.", "luganda": "Ye musajja asinga obukadde ku kyalo." }, { "english": "He is committed to his job.", "luganda": "Ayagala nnyo omulimu gwe." }, { "english": "We are required to pay at least two million Ugandan shillings.", "luganda": "Batwetaaza okusasula waakiri obukadde bubiri obwa ssente za Ugandan." }, { "english": "The fire started from the kitchen.", "luganda": "Omuliro gwatandikidde mu ffumbiro." }, { "english": "You have been invited to attend the wedding.", "luganda": "Oyitiddwa okubaawo ku mbaga." }, { "english": "We are still looking for more money.", "luganda": "Tukyanoonya ssente endala." }, { "english": "The government spends less money on the health system.", "luganda": "Gavumenti eby'obujjanjabi ebissaamu ssente ntono." }, { "english": "Do our leaders ever listen to our opinions?", "luganda": "Abakulembeze baffe banaatuwuliriza ddi?" }, { "english": "What is the date today?", "luganda": "Leero ennaku z'omwezi ziri mmeka?" }, { "english": "The national budget hasn’t been taken to parliament.", "luganda": "Embalirira y'eggwanga tennatwalibwa mu paliyament." }, { "english": "She didn’t respond to my question.", "luganda": "Teyazzeemu kibuuzo kyange." }, { "english": "How many districts are in Uganda?", "luganda": "Uganda erimu disitulikiti mmeka?" }, { "english": "I don’t know what to say.", "luganda": "Simanyi kya kwogera." }, { "english": "She has stopped breastfeeding.", "luganda": "Yalekera awo okuyonsa." }, { "english": "Do you know the number of doctors in this country?", "luganda": "Omanyi abasawo bameka abali mu ggwanga lino?" }, { "english": "Are these twins your children?", "luganda": "Abaana bano abalongo babo?" }, { "english": "She spent the whole night crying.", "luganda": "Yamaze ekiro kyonna ng'akaaba." }, { "english": "He was rushed to the hospital last night.", "luganda": "Yaddusiddwa mu ddwaliro ekiro ekikeesezza olwa leero." }, { "english": "The babies were underweight.", "luganda": "Abaana baabadde bawewuka nnyo." }, { "english": "This bottle did not have a cover.", "luganda": "Ecupa eno teyabaddeko kasaanikira." }, { "english": "These girls are still young.", "luganda": "Abawala bano bakyali bato." }, { "english": "We are welcoming any support.", "luganda": "Twaniriza obuyambi bwonna." }, { "english": "Do you have some money on you?", "luganda": "Olinawo ku ssente?" }, { "english": "What are you writing?", "luganda": "Owandiika ki?" }, { "english": "I am almost getting done.", "luganda": "Nnaatera okumala." }, { "english": "He sold that piece of land to my friend.", "luganda": "Ettaka eryo yalitunza mukwano gwange." }, { "english": "What did you buy from the market?", "luganda": "Waguze ki mu katale?" }, { "english": "I did not expect to find you here.", "luganda": "Mbadde sisuubira kukusanga wano." }, { "english": "We want to build another ward at this hospital.", "luganda": "Twagala kuzimba waadi endala ku ddwaliro lino." }, { "english": "He did not know what to do.", "luganda": "Yabadde tamanyi kya kukola." }, { "english": "I have a request to make.", "luganda": "Nnina kye nsaba." }, { "english": "My friends helped me a lot when I was sick.", "luganda": "Mikwano gyange bannyamba nnyo bwe nnali omulwadde." }, { "english": "He earns less than ten million Ugandan shillings.", "luganda": "Omusaala gwe teguweza bukadde kkumi obwa ssente za Uganda." }, { "english": "Why should I worry about the future?", "luganda": "Lwaki nnandibadde nneeraliikirira ebiseera eby'omu maaso?" }, { "english": "Don’t lose hope everything will be fine.", "luganda": "Toggwaamu ssuumi ebintu bijja kutereera." }, { "english": "The transport fees are high.", "luganda": "Ebisale by'entambula biri waggulu." }, { "english": "I can't see the money that I put in my bag.", "luganda": "Ssente ze nnatadde mu nsawo yange siziraba." }, { "english": "She will surely help you.", "luganda": "Ajja kukuyamba." }, { "english": "The doctor wants to talk to you.", "luganda": "Omusawo ayagala kwogerako naawe." }, { "english": "I am waiting for the traffic lights to turn red.", "luganda": "Nninda ekitaala ekimyufu kyake." }, { "english": "What do you want me to do?", "luganda": "Oyagala nkole ki?" }, { "english": "My network is unstable.", "luganda": "Nneetiwaaka yange teteredde." }, { "english": "He ignored the question that I asked him.", "luganda": "Yagaanye okuddamu ekibuuzo kye nnamubuuzizza." }, { "english": "He has bought a new car.", "luganda": "Yaguze emmotoka empya." }, { "english": "She has been referred to another hospital.", "luganda": "Baamusindise mu ddwaliro ddala." }, { "english": "How many people will you invite to your wedding?", "luganda": "Onooyita abantu bameka ku mbaga yo?" }, { "english": "He works from India.", "luganda": "Akolera Buyindi." }, { "english": "She addressed the parliament this afternoon.", "luganda": "Yayogeddeko eri palamenti olweggulo lwa leero." }, { "english": "I want what is best for my children.", "luganda": "Abaana bange mbaagaliza ekisingayo obulungi." }, { "english": "His grandfather feeds through a tube.", "luganda": "Jjajjaawe aliira mu kapiira." }, { "english": "Where did you put the keys?", "luganda": "Ebisumuluzo wabitadde wa?" }, { "english": "I can't stand here for so long.", "luganda": "Sisobola kuyimirira wano kumala bbanga ddene." }, { "english": "He hasn’t talked to me in three days.", "luganda": "Amaze ennaku ssatu nga tayogera nange." }, { "english": "Where are the girls playing from?", "luganda": "Abawala bazannyira wa?" }, { "english": "He doesn't know how to swim.", "luganda": "Tamanyi kuwuga." }, { "english": "Where is your husband?", "luganda": "Omwami wo aliwa?" }, { "english": "Have we met before?", "luganda": "Twali tusisinkanyeeko?" }, { "english": "This door is beautiful.", "luganda": "Oluggi luno lulabika bulungi." }, { "english": "Let us call him right now.", "luganda": "Ka tumukubire kati." }, { "english": "What is the problem?", "luganda": "Mutawaana ki?" }, { "english": "What are the benefits of breastfeeding?", "luganda": "Miganyulo ki egiri mu kuyonsa omwana?" }, { "english": "I haven't taken anything since morning.", "luganda": "Sinnalya kantu konna okuva ku makya." }, { "english": "My husband no longer returns home early.", "luganda": "Omwami wange takyakomawo mangu waka." }, { "english": "Have you talked to your uncle?", "luganda": "Oyogeddeko ne kojja wo?" }, { "english": "Why did you put this cup here?", "luganda": "Lwaki watadde ekikopo kino wano?" }, { "english": "My husband works from home.", "luganda": "Omwami wange akolera waka." }, { "english": "There is a certain book that I want to buy.", "luganda": "Waliwo ekitabo kye njagala okugula." }, { "english": "I am expecting a visitor this afternoon.", "luganda": "Waliwo omugenyi gwe nsuubira okujja olweggulo lwa leero." }, { "english": "This is my fourth year at this company.", "luganda": "Guno gwe mwaka ogw'okuna nga nkolera mu kampuni eno." }, { "english": "I need your advice on something.", "luganda": "Nsaba ompe ku magezi." }, { "english": "What job does your husband do?", "luganda": "Omwami wo akola mulimu ki?" }, { "english": "I am going to watch the news.", "luganda": "Ngenda kulaba mawulire." }, { "english": "The baby cried when I was leaving home.", "luganda": "Omwana yakaabye bwe nnabadde nva awaka." }, { "english": "What can I buy for you?", "luganda": "Nkugulireyo ki?" }, { "english": "She has been married for thirty years.", "luganda": "Amaze emyaka asatu mu bufumbo." }, { "english": "Your voice is too low.", "luganda": "Eddoboozi lyo liri wansi nnyo." }, { "english": "She reported her husband to the police for beating her.", "luganda": "Yawawaabidde omwami we ku poliisi olw'okumukuba." }, { "english": "What plans do you have for tomorrow?", "luganda": "Nteekateeka ki z'olina enkya?" }, { "english": "I want to learn a second language.", "luganda": "Njagala kuyigayo olulimi olulala." }, { "english": "What did your husband say?", "luganda": "Omwami wo yagambye ki?" }, { "english": "She works with the ministry of health.", "luganda": "Akolera mu kitongole ky'eby'obulamu." }, { "english": "Where is your son?", "luganda": "Mutabani wo aliwa?" }, { "english": "She is eighteen years old.", "luganda": "Alina emyaka kkumi na munaana." }, { "english": "That classroom has been divided into two sections.", "luganda": "Ekibiina ekyo kyawuddwamu ebitundu bibiri." }, { "english": "She has gone for a job interview.", "luganda": "Agenze kukola yintaviyu ya mulimu." }, { "english": "The words that you used were not proper.", "luganda": "Ebigambo bye wakozesezza tebyabadde birungi." }, { "english": "Where did you find this girl?", "luganda": "Omuwala ono wamusanze wa?" }, { "english": "He doesn’t know how to use a computer.", "luganda": "Tamanyi kukozesa kompyuta." }, { "english": "Did she say anything about me?", "luganda": "Alina kye yanjogeddeko?" }, { "english": "I can't do anything at this time.", "luganda": "Sirina kye nsobola kukola mu kiseera kino." }, { "english": "He asked me several questions that I didn’t understand.", "luganda": "Yambuuza ebibuuzo ebiwerako bye saategeera." }, { "english": "How many people turned up for the interview?", "luganda": "Bantu bameke abazze okukola yintaviyu?" }, { "english": "What does your mother sell at the market?", "luganda": "Maama wo atunda ki mu katale?" }, { "english": "She is sweeping the compound.", "luganda": "Ayera luggya." }, { "english": "Where does your friend study from?", "luganda": "Mukwano gwo asomera wa?" }, { "english": "He put the phone on that table.", "luganda": "Essimu yagitadde ku mmeeza." }, { "english": "He wants to change the education system.", "luganda": "Ayagala kukyusa mu by'enjigiriza." }, { "english": "Where has your son gone?", "luganda": "Mutabani wo agenze wa?" }, { "english": "What do you suggest?", "luganda": "Ggwe olowooza ki?" }, { "english": "He didn’t give me bread.", "luganda": "Teyampadde mugaati." }, { "english": "Most of the parents attended the meeting.", "luganda": "Abazadde abasinga obungi baaliwo mu lukungaana." }, { "english": "She knows how to cook.", "luganda": "Amanyi okufumba." }, { "english": "We are running out of time.", "luganda": "Obudde butuggwaako." }, { "english": "Tell your father the truth.", "luganda": "Taata wo mubuulire amazima." }, { "english": "Where are the children?", "luganda": "Abaana bali ludda wa?" }, { "english": "Have you filled in those forms?", "luganda": "Ojjuzzaamu foomu ezo?" }, { "english": "We were told to work from home.", "luganda": "Baatugamba okukolera awaka." }, { "english": "She came here with several other children.", "luganda": "Yazze wano ng'alina abaana abalala abawerako." }, { "english": "What skills do you have?", "luganda": "Olina bumanyirivu ki?" }, { "english": "You are allowed to speak to your lawyer.", "luganda": "Okkirizibwa okwogera ne looya wo." }, { "english": "I haven't washed my plates.", "luganda": "Sinnaba kwoza sowaani zange." }, { "english": "They are celebrating thirteen years in marriage.", "luganda": "Bajaguza emyaka kkumi n'esatu mu bufumbo." }, { "english": "May I look at your national identity card please.", "luganda": "Nsaba kulaba ku ndagamuntu yo." }, { "english": "She wants to join a tertiary institution.", "luganda": "Ayagala kugenda mu ttendekero erya waggulu." }, { "english": "He was not given time to prepare for the interview.", "luganda": "Teyaweebwa budde bumala kweteekerateekera yintaviyu." }, { "english": "Those are nice trousers.", "luganda": "Eyo empale nnungi." }, { "english": "What happened to your eye?", "luganda": "Amaaso go gaabadde ki?" }, { "english": "The announcement was made on the radio.", "luganda": "Ekirango kyayisibwa ku leediyo." }, { "english": "He did not sign the agreement.", "luganda": "Teyassa mukono ku ndagaano." }, { "english": "She doesn’t think about marriage.", "luganda": "Talowooza ku bufumbo." }, { "english": "Which color should I select?", "luganda": "Langi ki gye mba nnonda?" }, { "english": "I am taking my academic documents to the manager.", "luganda": "Ntwalira maneja ebiwandiiko byange eby'obuyigirize." }, { "english": "What is your name?", "luganda": "Erinnya lyo ggwe ani?" }, { "english": "The minister has called for an emergency meeting.", "luganda": "Omubaka ayise olukungaana olw'amangu." }, { "english": "The national football team players are residing at that hotel.", "luganda": "Abasambi b'omupiira aba ttiimu y'eggwanga basula mu wooteeri eyo." }, { "english": "He stands there every night to look at the stars.", "luganda": "Awo w'ayimirira buli kiro okutunuulira emmunyeenye." }, { "english": "This road was named after the first prime minister of Uganda.", "luganda": "Erinnya ly'oluguudo luno lyabbululwa mu linnya lya ssaabaminisita wa Uganda eyasooka." }, { "english": "The football stadium has a total of forty thousand seats.", "luganda": "Ekisaawe ky'omupiira ekyo kituuza abantu emitwalo ena." }, { "english": "She is washing her clothes.", "luganda": "Ayoza ngoye ze." }, { "english": "You will be given a transport refund in case you attend the meeting.", "luganda": "Bw'obaawo mu lukungaana ssente z'entambula zijja kukuddizibwa." }, { "english": "The hotel has been sold.", "luganda": "Wooteeri eyo baagitunze." }, { "english": "The next football world cup competition will be hosted by Qatar.", "luganda": "Empaka z'omupiira gw'ebigere ez'ekikopo ky'ensi yonna eziddako zijja kuba Qatar." }, { "english": "He is the best photographer in this town.", "luganda": "Ye mukubi w'ebifaananyi asinga mu kabuga kano." }, { "english": "His son is a medical doctor.", "luganda": "Mutabani we musawo." }, { "english": "What are you looking at?", "luganda": "Otunuulira ki?" }, { "english": "She had three music artists at her wedding.", "luganda": "Ku mbaga ye kwaliko abayimbi basatu." }, { "english": "I want to buy a new laptop.", "luganda": "Njagala kugula laputoopu empya." }, { "english": "There is someone standing behind the car.", "luganda": "Waliwo omuntu ayimiridde emabega w'emmotoka." }, { "english": "This man was born with one arm.", "luganda": "Omusajja ono yazaalibwa alina mukono gumu." }, { "english": "He teaches at that university.", "luganda": "Asomesa ku yunivasite." }, { "english": "The group leader is calling you.", "luganda": "Omukulembeze w'ekibinja akuyita." }, { "english": "We are excited to be here.", "luganda": "Tuli basanyufu nnyo okuba wano." }, { "english": "He has gone to see the doctor.", "luganda": "Agenze kulaba musawo." }, { "english": "I want to go and watch a movie.", "luganda": "Njagala kugenda kulaba firimu." }, { "english": "When will you plant these beans?", "luganda": "Ebijanjaalo bino onoobisimba ddi?" }, { "english": "The moneylender gave me seventy two hours to pay back his money.", "luganda": "Omuwozi wa ssente yampa essaawa nsanvu mu bbiri okusasula ssente ze." }, { "english": "Where is the green bucket?", "luganda": "Bbaketi ya kiragala eri ludda wa?" }, { "english": "His son was also among the people that were arrested last night.", "luganda": "Mutabani we y'omu ku bantu abaakwatiddwa ekiro ekikeesezza olwa leero." }, { "english": "The university has released the examination timetable.", "luganda": "Yunivasite efulumizza enteekateeka y'okutuula ebibuuzo." }, { "english": "He plays for the national cricket team.", "luganda": "Azannyira ttiimu y'eggwanga eya cricket." }, { "english": "Did your father allow you to go to the party?", "luganda": "Taata wo yakukkirizza okugenda ku kabaga?" }, { "english": "I am going to pick my friend from the airport.", "luganda": "Ngenda ku kisaawe ky'ennyonyi kukima mukwano gwange." }, { "english": "The blackout was initially reported on social media.", "luganda": "Eky'amasannyalaze okuvaako kyasoose kwogerwako ku mikutu emigattabantu." }, { "english": "Did you fry all the eggs?", "luganda": "Amagi gonna wagasiise?" }, { "english": "He is finalizing with his speech.", "luganda": "Amaliriza okwogera kwe." }, { "english": "They spent three hours cleaning their house.", "luganda": "Baamaze essaawa ssatu nga balongoosa ennyumba yaabwe." }, { "english": "Have you seen the new school uniform?", "luganda": "Olabye yunifoomu y'essomero empya?" }, { "english": "He has gone to visit his brother at school.", "luganda": "Agenze kulaba muganda we ku ssomero." }, { "english": "She took the picture when the bus was moving.", "luganda": "Ekifaananyi yakikubye nga bbaasi etambula." }, { "english": "The school is building a new classroom block.", "luganda": "Essomero lizimba ebibiina ebipya." }, { "english": "How many seconds are in two minutes?", "luganda": "Butikitiki bumeka obuli mu ddakiika ebbiri?" }, { "english": "He was cooling the baby's tea.", "luganda": "Yabadde awoza caayi w'omwana." }, { "english": "The thieves broke into the shop.", "luganda": "Ababbi baamenye ne bayingira edduuka." }, { "english": "How many crates of soda should I buy?", "luganda": "Ngule kuleeti za sooda mmeka?" }, { "english": "Where do you keep the flasks?", "luganda": "Fulasika ozitereka wa?" }, { "english": "The ice has melted.", "luganda": "Bbalaafu asaanuuse." }, { "english": "I am going to check on the chicken in the oven.", "luganda": "Ngenda kukebera ku nkoko eri mu oveni." }, { "english": "What is the name of the teacher that you want to see?", "luganda": "Erinnya ly'omusomesa gw'oyagala okulaba y'ani?" }, { "english": "A two-storey building collapsed in Kampala yesterday.", "luganda": "Ekizimbe kya myaliriro ebiri kyagudde mu Kampala jjo." }, { "english": "This lake is one of the deepest lakes in the world.", "luganda": "Ennyanja eno y'emu ku nnyanja ezisingayo obuwanvu mu nsi." }, { "english": "You spent a lot of time explaining yourself to the teacher.", "luganda": "Wamaze ekiseera kiwanvu nga wennyonnyolako eri omusomesa." }, { "english": "Where did you find this man?", "luganda": "Omusajja ono wamusanga wa?" }, { "english": "Uganda has bought two new passenger planes.", "luganda": "Uganda eguze ennyonyi z'abasaabaze bbiri empya." }, { "english": "Who has opened that door?", "luganda": "Ani aguddewo oluggi olwo?" }, { "english": "The moon is too bright tonight.", "luganda": "Omwezi gwaka nnyo leero." }, { "english": "He wants to go to bed.", "luganda": "Ayagala kwebaka." }, { "english": "Is the brain the most important body part?", "luganda": "Obwongo kye kitundu ky'omubiri ekisingayo obukulu?" }, { "english": "Did you have supper yesterday?", "luganda": "Walidde eky'eggulo jjo?" }, { "english": "Her body temperature has increased.", "luganda": "Ebbugumu ly'omubiri gwe lyeyongedde." }, { "english": "I like being alone.", "luganda": "Njagala nnyo okubeera nzekka." }, { "english": "There is a new teacher in class.", "luganda": "Mu kibiina mulimu omusomesa omupya." }, { "english": "You like spoiling everything that you set your hands on.", "luganda": "Buli kimu ky'ossaako engalo oyagala okukyonoona." }, { "english": "Why isn't there light in your room?", "luganda": "Lwaki mu kisenge kyo temuliimu kitangaala?" }, { "english": "He behaves differently these days.", "luganda": "Ennaku zino yeeyisa mu ngeri ya njawulo." }, { "english": "The kidnappers told the parents not to call the police.", "luganda": "Abaamuwambye baagambye bazadde be obutakubira poliisi ssimu." }, { "english": "She found a rat in the kettle.", "luganda": "Mu bbinika yasanzeemu emmese." }, { "english": "Do you know where the statehouse is found?", "luganda": "Omanyi wa amaka g'obwa pulezidenti gye gasangibwa?" }, { "english": "Someone woke me up when I was sleeping.", "luganda": "Waliwo eyanzuukusizza nga nneebase." }, { "english": "My friend is a nurse.", "luganda": "Mukwano gwange musawo." }, { "english": "How can a person benefit from insurance?", "luganda": "Omuntu ayinza atya okuganyulwa mu yinsuwa?" }, { "english": "The student collapsed when the teacher started beating him.", "luganda": "Omwana yazirise omusomesa bwe yatandise okumukuba." }, { "english": "She has written a new book about her father.", "luganda": "Awandiise ekitabo ekipya ekikwata ku kitaawe." }, { "english": "The clock no longer works.", "luganda": "Essaawa tekyakola." }, { "english": "Where do you study from?", "luganda": "Osomera wa?" }, { "english": "I didn’t understand what the security guard said.", "luganda": "Saategedde mukuumi kye yagambye." }, { "english": "He has a son who studies at that University.", "luganda": "Alina mutabani we asomera ku yunivasite." }, { "english": "He has gone for the Climate Change conference in Japan.", "luganda": "Agenze Japan mu lukungaana olukwata ku nkyukakyuka mu mbeera y'obutonde." }, { "english": "Did you know that frogs also lay eggs?", "luganda": "Obadde okimanyi nti n'ebikere nabyo bibiika amagi?" }, { "english": "What is the capital city of Argentina?", "luganda": "Ekibuga ekikulu ekya Argentina kye kiruwa?" }, { "english": "He was involved in an accident which left his arm broken.", "luganda": "Yagudde ku kabenje omukono gwe ne gumenyeka." }, { "english": "May you identify yourself please?", "luganda": "Ggwe ani?" }, { "english": "That shoe is slightly different from mine.", "luganda": "Engatto eyo eyawukanamu katono ku yange." }, { "english": "I found a frog on top of that table.", "luganda": "Nnasanze ekikere waggulu ku mmeeza." }, { "english": "The bank has declared a profit of Uganda shillings two hundred and sixty million.", "luganda": "Bbanka erangiridde amagoba ga bukadde bibiri mu nkaaga obwa ssente za Uganda." }, { "english": "It is one of the biggest mining companies in Africa.", "luganda": "Y'emu ku kampuni z'ebirombe ezisingayo obunene mu Afirika." }, { "english": "Where does she stay?", "luganda": "Asula wa?" }, { "english": "That school was built out of my parents' efforts.", "luganda": "Bazadde bange be baawoma omutwe mu kuzimba essomero eryo." }, { "english": "How much is the registration fee?", "luganda": "Ssente z'okwewandiisa ziri mmeka?" }, { "english": "Most of the girls were impregnated during the holidays.", "luganda": "Abawala abasinga obungi embuto baazifuna mu kiseera kya luwummula." }, { "english": "I was transferred to a new school.", "luganda": "Bankyusa essomero." }, { "english": "She doesn’t have anyone willing to pay her tuition.", "luganda": "Talina muntu yenna ayagala kumusasulira bisale bya yunivasite." }, { "english": "How many learners came to school today?", "luganda": "Bayizi bameka abazze ku ssomero leero?" }, { "english": "His son plays football every evening.", "luganda": "Mutabani we azannya omupiira buli kawungeezi." }, { "english": "The headteacher has called for a staff meeting.", "luganda": "Omukulu w'essomero ayise olukungaana lw'abasomesa." }, { "english": "He wants to start up an organization that helps orphans.", "luganda": "Ayagala kutandikawo kibiina ekiyamba bamulekwa." }, { "english": "The government provided blankets to the people that were affected by the floods.", "luganda": "Gavumenti yawadde bbulangiti abantu abaakosebwa amataba." }, { "english": "Does she speak good English?", "luganda": "Ayogera bulungi Olungereza?" }, { "english": "Today is my friend's birthday.", "luganda": "Leero mazaalibwa ga mukwano gwange." }, { "english": "What is your dream job?", "luganda": "Oyagala kukola mulimu ki?" }, { "english": "The school has more than five hundred learners.", "luganda": "Essomero lirina abayizi abasukka mu bitaano." }, { "english": "She loves her job.", "luganda": "Ayagala nnyo omulimu gwe." }, { "english": "Thirty two thousand people turned up for vaccination.", "luganda": "Abantu emitwalo esatu mu enkumi bbiri be bajja okugemebwa." }, { "english": "They haven't paid school fees.", "luganda": "Tebannasasula bisale bya ssomero." }, { "english": "Her father doesn’t care about the life she is living.", "luganda": "Taata we tafaayo ku ngeri gy'atambuzaamu bulamu bwe." }, { "english": "I want to roast some maize.", "luganda": "Njagala kwokya ku kasooli." }, { "english": "The volume of the television is too high.", "luganda": "Eddoboozi lya ttivi liri waggulu nnyo." }, { "english": "His last born child is eight years old.", "luganda": "Omwana we omuggalanda wa myaka munaana." }, { "english": "Most of the girls in the villages go with their mothers to the markets.", "luganda": "Abawala abasinga obungi ku kyalo bagenda ne bamaama baabwe mu katale." }, { "english": "Do you know of anyone who can lend me some money?", "luganda": "Olinayo omuntu yenna gw'omanyi asobola okumpola ssente?" }, { "english": "They are celebrating ten years of marriage.", "luganda": "Bajaguza emyaka munaana gye bamaze mu bufumbo." }, { "english": "When did your sister return from the village?", "luganda": "Muganda wo yakomyewo ddi okuva mu kyalo?" }, { "english": "The school is registering new workers.", "luganda": "Essomero liwandiisa abakozi abapya." }, { "english": "What is your primary objective?", "luganda": "Ekigendererwa kyo ekikulu kye kiruwa?" }, { "english": "I am going to the football pitch.", "luganda": "Ngenda ku kisaawe ky'omupiira." }, { "english": "How do people cross this river?", "luganda": "Abantu basomoka batya omugga guno?" }, { "english": "What would you say about your friend?", "luganda": "Kiki ky'oyinza okwogera ku mukwano gwo?" }, { "english": "They are renovating the classrooms at our school.", "luganda": "Ebibiina ku ssomero lyaffe bali mu kubidaabiriza." }, { "english": "The government has offered to renovate the stalls at the community market.", "luganda": "Gavumenti egambye nti egenda kudaabiriza emidaala gy'akatale aka lukale." }, { "english": "What is happening at that place?", "luganda": "Ekifo ekyo bakoleramu ki?" }, { "english": "Her husband is a judge of the High Court.", "luganda": "Omwami we mulamuzi mu Kkooti Enkulu." }, { "english": "Which company was contracted to construct the main gate at Makerere University?", "luganda": "Kampuni ki eyaweebwa omulimu ogw'okuzimba wankaaki omukulu owa yunivasite y'e Makerere?" }, { "english": "There is no electricity at home.", "luganda": "Awaka tewaliiwo masannyalaze." }, { "english": "Has the teacher entered the classroom yet?", "luganda": "Omusomesa amaze okuyingira mu kibiina?" }, { "english": "I called you using a friend's phone.", "luganda": "Nnakukubidde nga nkozesa ssimu ya mukwano gwange." }, { "english": "She has gone to gather some firewood from the forest.", "luganda": "Agenze mu kibira kussennya nku." }, { "english": "The goat has given birth to three kids.", "luganda": "Embuzi ezadde obwana busatu." }, { "english": "Where is your headteacher's office?", "luganda": "Ofiisi y'omukulu w'essomero lyammwe eriwa?" }, { "english": "She sold all the turkeys that she had at her place.", "luganda": "Ssekkoko zonna ze yabadde alina yazitunze." }, { "english": "I want to go to town over the weekend.", "luganda": "Njagala kugenda mu kibuga ku wiikendi." }, { "english": "He has sent me pictures of the new laptop.", "luganda": "Ansindikidde ebifaananyi bya laputoopu empya." }, { "english": "I want to buy land.", "luganda": "Njagala kugula ttaka." }, { "english": "Does this area have a good network?", "luganda": "Ekifo kino kirina nneetiwaaka nnungi?" }, { "english": "Isn't that a swamp?", "luganda": "Eyo si ntobazi?" }, { "english": "Borehole water is not good for washing clothes.", "luganda": "Amazzi ga nnayikondo si malungi kwozesa ngoye." }, { "english": "Wake me up after thirty minutes.", "luganda": "Nzuukusa oluvannyuma lw'eddakiika asatu." }, { "english": "Do you have boiled water in the house?", "luganda": "Olina amazzi amafumbe mu nnyumba?" }, { "english": "We have taken long without speaking to each other.", "luganda": "Tumaze ebbanga nga tetwogera." }, { "english": "She is a very hard working woman.", "luganda": "Mukazi mukozi nnyo." }, { "english": "Who has beaten you?", "luganda": "Ani akukubye?" }, { "english": "How does this machine work?", "luganda": "Masiini eno ekola etya?" }, { "english": "This road was renovated by the people of this community.", "luganda": "Abantu b'oku kyalo kino be badaabiriza oluguudo luno." }, { "english": "Her father has been supportive during her education.", "luganda": "Taata we amubeereddewo nnyo mu kusoma kwe." }, { "english": "The minister planted a tree as a memorial of his visit.", "luganda": "Omubaka yasimbye omuti olukyala lwe lusobole okujjukirwanga." }, { "english": "He leaves office early these days.", "luganda": "Ennaku zino akeera okuva mu ofiisi." }, { "english": "This land is not for sale.", "luganda": "Ettaka lino teritundibwa." }, { "english": "Do you think the magistrate was bribed?", "luganda": "Olowooza omulamuzi baamuguliridde?" }, { "english": "The president has passed here in his black car.", "luganda": "Pulezidenti ayise wano ng'ali mu mmotoka ye enzirugavu." }, { "english": "Should we expect anything serious from the police?", "luganda": "Olowooza waliwo eky'amaanyi kye tusuubira mu poliisi?" }, { "english": "The minister for lands is sick.", "luganda": "Minisita w'eby'ettaka mulwadde." }, { "english": "Haven't you been told not to move at night?", "luganda": "Tebaakugamba olekere awo okutambula ekiro?" }, { "english": "Land evictions are common these days.", "luganda": "Ennaku zino abantu bangi bagobwa ku ttaka." }, { "english": "You should start drinking warm water every morning.", "luganda": "Olina okutandika okunywa amazzi agabuguma buli kumakya." }, { "english": "The police spokesperson will be addressing the media in a few minutes.", "luganda": "Omwogezi wa poliisi ajja kuba ayogerako eri bannamawulire mu ddakiika ntono okuva kati." }, { "english": "Why are you lying to the people?", "luganda": "Lwaki olimba abantu?" }, { "english": "Where does the Chief Justice come from?", "luganda": "Omulamuzi omukulu ava wa?" }, { "english": "This man has been to China more than once.", "luganda": "Omusajja ono abaddeko mu China omulundi ogusukka mu gumu." }, { "english": "He tried to restart the car but it failed.", "luganda": "Yagezezzaako okutandika emmotoka naye n'egaana." }, { "english": "That teacher always comes late.", "luganda": "Bulijjo omusomesa oyo atuuka kikeerezi." }, { "english": "We all know that you love her.", "luganda": "Ffenna tukimanyi nti omwagala." }, { "english": "I have taken long without taking mango juice.", "luganda": "Ntutte ebbanga nga sinwa mucuuzi gwa miyembe." }, { "english": "The football team has bought a new player.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira yaguze omusambi omupya." }, { "english": "Have you ever sailed in a boat?", "luganda": "Wali osaabaliddeko mu lyato?" }, { "english": "Did you bring the invitation card with you?", "luganda": "Ozze ne kaadi ekwaniriza?" }, { "english": "The police has chased the boys that were playing around the building.", "luganda": "Poliisi egobye abalenzi abaabadde bazannyira okumpi n'ekizimbe." }, { "english": "He was compensated with one hundred eighty three billion Ugandan shillings for loss of business.", "luganda": "Baamuliyiridde obuwumbi kikumi kinaana mu busatu olw'okufiirwa bizineesi ye." }, { "english": "Our wedding ceremony was in the month of June.", "luganda": "Omukolo gwaffe ogw'embaga gwaliwo mu mwezi gw'omukaaga." }, { "english": "His father is a pastor.", "luganda": "Taata we mubuulizi." }, { "english": "The High Court has dismissed the murder case against me.", "luganda": "Kooti enkulu egobye omusango ogw'obutemu ogwampawaabirwa." }, { "english": "The president will address the nation on Saturday.", "luganda": "Pulezidenti ajja kwogerako eri eggwanga ku Lwomukaaga." }, { "english": "That piece of land does not belong to him.", "luganda": "Ettaka eryo si lirye." }, { "english": "The chairperson of the company will address the farmers on the best farming practices.", "luganda": "Ssentebe wa kampuni ajja kwogerako eri abalimi ku nnima ennungi." }, { "english": "He beats his wife every night.", "luganda": "Buli kiro akuba mukazi we." }, { "english": "The land matter was taken to court yesterday.", "luganda": "Ensonga y'ettaka yatwaliddwa mu kkooti jjo." }, { "english": "That is a very nice dress.", "luganda": "Ekiteeteeyi ekyo kirungi." }, { "english": "This district is ten thousand kilometers away from the Capital City.", "luganda": "Disitulikiti eno yeesudde kiromita omutwalo gumu okuva mu kibuga ekikulu." }, { "english": "They have been asked to vacate the land in two weeks.", "luganda": "Babalagidde okwamuka ettaka mu wiiki bbiri." }, { "english": "Oil was discovered in Uganda fifteen years ago.", "luganda": "Amafuta gaazuulwa mu Uganda emyaka kkumi n'etaano emabega." }, { "english": "He wants to have a meeting with the leaders from the district.", "luganda": "Ayagala okufuna olukungaana n'abakulembeze ba disitulikiti." }, { "english": "Who pays your salary?", "luganda": "Ani asasula omusaala gwo?" }, { "english": "The words of the minister have been disrespected.", "luganda": "Abantu banyoomodde ebigambo bya minisita." }, { "english": "The river has washed away the bridge.", "luganda": "Omugga gweze olutindo." }, { "english": "Whose car is that?", "luganda": "Emmotoka eno y'ani?" }, { "english": "In Uganda refugees have a right to education work private property and healthcare.", "luganda": "Mu Uganda abanoonyi b'obubudamo balina eddembe okufuna obuyigirize okukola okuba n'ebintu ebyabwe ku bwaabwe n'okufuna obujjanjabi." }, { "english": "We walked by the side of the lake together.", "luganda": "Twatambulidde wamu ku lubalama lw'ennyanja." }, { "english": "I will answer all the questions that you want to ask.", "luganda": "Nja kuddamu ebibuuzo byonna bye mwagala okubuuza." }, { "english": "Do you plan on doing anything this afternoon?", "luganda": "Olina ky'oteekateeka okukola olweggulo lwa leero?" }, { "english": "What is the news about?", "luganda": "Amawulire gakwata ku ki?" }, { "english": "The landlord has given her three days to leave the house.", "luganda": "Landiloodi amuwadde ennaku ssatu ave mu nnyumba." }, { "english": "She is playing in the rain.", "luganda": "Azannyira mu nkuba." }, { "english": "The village chairperson did not pass on the information to the people.", "luganda": "Ssentebe w'ekyalo teyategeezezza bantu bubaka obwo." }, { "english": "He is currently doing research on something.", "luganda": "Kati alina ky'anoonyerezaako." }, { "english": "Which organization do you work for?", "luganda": "Okolera kitongole ki?" }, { "english": "What do you want to tell him?", "luganda": "Kiki ky'oyagala okumugamba?" }, { "english": "He has been our group leader for more than five years.", "luganda": "Abadde mukulembeze w'ekibinja kyaffe okumala emyaka egisukka mu etaano." }, { "english": "He wants to build a bigger house.", "luganda": "Ayagala kuzimba ennyumba enneneko." }, { "english": "He was escorted by his friends.", "luganda": "Mikwano gye baamuwerekeddeko." }, { "english": "The lawyers did not show up at court.", "luganda": "Bannamateeka tebaalabiseeko mu kkooti." }, { "english": "His friend is a police officer.", "luganda": "Mukwano gwe misirikale wa poliisi." }, { "english": "She was suspended from school after fighting with another student.", "luganda": "Baamugobye ku ssomero lwa kulwana na muyizi mulala." }, { "english": "He sells men's shirts only.", "luganda": "Atunda masaati ga basajja gokka." }, { "english": "What is the name of your village?", "luganda": "Ekyalo kyammwe bakiyita batya?" }, { "english": "I bought this land twenty years ago.", "luganda": "Nnagula ettaka lino emyaka abiri emabega." }, { "english": "He spent the whole day at the Police station.", "luganda": "Olunaku lwonna yalumaze ali ku poliisi." }, { "english": "History was my best done subject in the final year exams.", "luganda": "Essomo ly'Ebyafaayo lye nnasinga okukola obulungi mu bibuuzo eby'akamalirizo." }, { "english": "My goal is to do at least one mathematics number every day.", "luganda": "Nnina ekiruubirirwa eky'okukolayo waakiri nnamba y'okubala emu buli lunaku." }, { "english": "Uganda celebrates its independence on the ninth of October every year.", "luganda": "Uganda ekuza ameefuga gaayo nga Okitobba mwenda buli mwaka." }, { "english": "I can help you to achieve your goals.", "luganda": "Nsobola okukuyamba okutuuka ku biruubirirwa byo." }, { "english": "He wrote a book about the war in Nigeria.", "luganda": "Yawandiika ekitabo ekikwata ku lutalo lw'e Nigeria." }, { "english": "I wish you a safe journey.", "luganda": "Nkwagaliza olugendo olulungi." }, { "english": "She works so hard to support her children.", "luganda": "Akola nnyo okulabirira abaana be." }, { "english": "It hurts to see him struggle this way.", "luganda": "Kinakuwaza nnyo okumulaba ng'abonaabona bw'atyo." }, { "english": "I sat my senior six exams in two thousand eighteen.", "luganda": "Nnatuula ebigezo byange ebya siniya ey'omukaaga mu nkumi bbiri mu kkumi na munaana." }, { "english": "She had a breathing problem so she was put on a medical ventilator.", "luganda": "Yali tassa bulungi ne bamuteeka ku kyuma ekiyamba mu kussa." }, { "english": "You need to work together as a team.", "luganda": "Mwetaaga okukolera awamu nga ttiimu." }, { "english": "Most of the things made locally are cheap.", "luganda": "Ebintu ebisinga ebikolerwa wano si bya buseere." }, { "english": "The nurse sees many patients every day.", "luganda": "Omusawo ajjanjaba abalwadde bangi buli lunaku." }, { "english": "Your documents will remain safe with us.", "luganda": "Ebiwandiiko byo tujja kubikuuma bulungi." }, { "english": "His mother reminded him to do his homework before going to bed.", "luganda": "Maama we yamujjukizza okukola ebyamuweereddwa ku ssomero nga tanneebaka." }, { "english": "He has a twin sister but they do not look alike.", "luganda": "Ye ne muganda we balongo naye tebafaanagana." }, { "english": "Some coronavirus vaccines are still under clinical trials.", "luganda": "Eddagala lya corona erimu bakyaligezesa." }, { "english": "He is planning to go for further studies.", "luganda": "Ateekateeka kwongera ku buyigirize bwe." }, { "english": "Some people are complaining about the high tax rates imposed on their businesses.", "luganda": "Abantu abamu beemulugunya ku misolo emingi gye batadde ku bizineesi zaabwe." }, { "english": "You should test for malaria and typhoid.", "luganda": "Weekebeze omusujja gw'ensiri ne tayifoodi." }, { "english": "Some products on the market have never been approved by the Uganda National Bureau of Standards.", "luganda": "Eby'amaguzi ebimu tebisembebwanga kitongole kya Uganda ekikola ku mutindo gw'ebintu." }, { "english": "How many points did you score in your senior six final exams?", "luganda": "Wafunye obubonero bumeka mu bibuuzo bya siniya ey'omukaaga eby'akamalirizo?" }, { "english": "Many hospitals in Uganda are facing an oxygen shortage.", "luganda": "Amalwaliro mangi mu Uganda tegakyalina mukka gwa okisijeeni." }, { "english": "We are encouraged to donate blood to save other people's lives.", "luganda": "Tukubirizibwa okugaba omusaayi okutaasa obulamu bw'abantu abalala." }, { "english": "There is a water shortage in the whole university.", "luganda": "Amazzi gabuze mu yunivasite yonna." }, { "english": "Uganda's total population is over forty four million people.", "luganda": "Abantu mu Uganda basukka mu bukadde ana mu buna." }, { "english": "The number of coronavirus patients in Uganda is rising at a fast rate.", "luganda": "Omuwendo gw'abalwadde ba corona mu Uganda gulinnya ku sipiidi nnene." }, { "english": "The president encouraged scientists to come up with innovations.", "luganda": "Pulezidenti yakubirizza bannassaayansi okuba abayiiya." }, { "english": "Some children in villages walk several miles to school.", "luganda": "Abaana abamu mu byalo batambula engendo mpanvu okugenda ku ssomero." }, { "english": "The presentation was a collaborative effort by all the students in class.", "luganda": "Abayizi bonna mu kibiina baakoledde wamu okwolesa." }, { "english": "I cannot access his bank account.", "luganda": "Sisobola kufuna ssente ku akawunta ye eya bbanka." }, { "english": "I will send a team of students to help you.", "luganda": "Nja kubaako abayizi be nsindika bakuyambeko." }, { "english": "What are your school requirements?", "luganda": "Ku ssomero lyammwe babeetaagisa ki?" }, { "english": "Her mother and sister visited her at school last Sunday.", "luganda": "Maama we ne muganda we baamukyalidde ku ssomero ku Ssande ewedde." }, { "english": "We shall have the English test five days from now.", "luganda": "Tujja kuba n'ekigezo ky'Olungereza mu nnaku ttaano okuva kati." }, { "english": "You must work hard to be successful.", "luganda": "Olina okukola ennyo okusobola okutuuka ku buwanguzi." }, { "english": "She applied for a job in her father's company.", "luganda": "Yasabye omulimu mu kampuni ya taata we." }, { "english": "We eat fresh fish every Sunday at home.", "luganda": "Awaka tulya kyennyanja kibisi buli lwa Ssande." }, { "english": "He transports fish in his car.", "luganda": "Emmotoka ye agitambulizaamu ebyennyanja." }, { "english": "I do not want to eat fish because it smells too much.", "luganda": "Saagala kulya byennyanja olw'okuba biwunya nnyo." }, { "english": "My grandmother stayed alone in the village.", "luganda": "Jjajja wange omukazi abeera yekka mu kyalo." }, { "english": "I noticed a number of cars parking in my uncle's compound.", "luganda": "Nnalabye emmotoka nnyingi nga zisimbye mu luggya lwa kkojja wange." }, { "english": "Gas from vehicles is bad for human health.", "luganda": "Omukka oguva mu mmotoka gwa bulabe eri obulamu bw'abantu." }, { "english": "She owns that car.", "luganda": "Emmotoka eyo yiye." }, { "english": "You cannot avoid me forever.", "luganda": "Tosobola kunneewala mirembe gyonna." }, { "english": "He was admitted to the hospital with lung cancer.", "luganda": "Baamuwadde ekitanda mu ddwaliro olw'okuba alina kookolo w'amawuggwe." }, { "english": "That musician died of food poisoning.", "luganda": "Omuyimbi oyo yafa lwa kulya mmere ya butwa." }, { "english": "Kakira is the biggest sugar factory in Uganda.", "luganda": "Ekkolero ly'e Kakira lye kkolero lya sukaali erisingayo obunene mu Uganda." }, { "english": "You should not leave your food exposed.", "luganda": "Tosaanidde kuleka mmere yo nga mbikkule." }, { "english": "My friend tested positive for coronavirus.", "luganda": "Mukwano gwange baamusanzeemu obulwadde bwa corona." }, { "english": "My mother sells fried fish by the roadside.", "luganda": "Maama wange atunda byennyanja bisiike ku mmabbali g'ekkubo." }, { "english": "Fish can be preserved by refrigerating it.", "luganda": "Okukuumira ebyennyanja mu firiigi kibiyamba obutayonooneka mangu." }, { "english": "The hawker carries fish in a basket and sells them to customers.", "luganda": "Omutembeeyi atambuza ebyennyanja mu kisero n'abiguza abantu." }, { "english": "Smoking is a good method of preserving fish.", "luganda": "Okukalirira ebyennyanja ku muliro nkola nnungi ebiyamba obutayonooneka mangu." }, { "english": "Eating spoilt food may cause diseases like diarrhea.", "luganda": "Okulya emmere eyonoonese kisobola okuleetera omuntu endwadde gamba ng'ekiddukano." }, { "english": "One of the causes of road accidents is over speeding.", "luganda": "Ekimu ku bivaako obubenje ku nguudo kwe kuvuga endiima." }, { "english": "Eating too much processed food poses a health threat to an individual.", "luganda": "Okulya ennyo emmere enkolerere kya bulabe eri obulamu bw'omuntu." }, { "english": "She stays in a dusty place.", "luganda": "Ekitundu ky'abeeramu kirimu enfuufu nnyingi." }, { "english": "He donated fish storage refrigerators to the traders.", "luganda": "Yawadde abasuubuzi firiigi ez'okuterekamu ebyennyanja." }, { "english": "It is not safe to move alone at night.", "luganda": "Kya bulabe okutambula wekka ekiro." }, { "english": "The transport fares have increased due to the coronavirus.", "luganda": "Ebisale by'entambula byeyongedde olw'ekirwadde kya corona." }, { "english": "Kampala district reported fifty seven more new cases of the coronavirus on Sunday.", "luganda": "Ku Ssande mu disitulikiti y'e Kampala mwazuuliddwamu abantu abalala ataano mu musanvu abalina obulwadde bwa corona." }, { "english": "Rwanda hosted the African Basketball Championship.", "luganda": "Rwanda yakyazizza empaka za Bannantammeggwa b'Omupiira gw'Ensero." }, { "english": "Many traders complained about the space allocations in the new market in Busia.", "luganda": "Abasuubuzi bangi beemulugunyizza ku ngabanya y'ebifo mu katale k'e Busia." }, { "english": "My mother reminded me to take my medicine in the morning.", "luganda": "Maama wange yanzijukizza okumira eddagala lyange ku makya." }, { "english": "They usually leave their children with a housekeeper when they are going to work.", "luganda": "Abaana baabwe batera kubalekera mukozi nga bagenda ku mulimu." }, { "english": "Beijing is the capital city of China.", "luganda": "Beijing kye kibuga ekikulu ekya China." }, { "english": "There are electricity poles that fell during the storm on Sunday.", "luganda": "Waliwo ebikondo by'amasannyalaze ebyagudde mu nkuba eyatonnye ku Ssande." }, { "english": "He was diagnosed with cancer.", "luganda": "Baamuzuddemu kookolo." }, { "english": "The president opened new markets in several districts last year.", "luganda": "Omwaka oguwedde pulezidenti yaggulawo obutale mu disitulikiti ezitali zimu." }, { "english": "Market vendors were asked to sleep in the market during the lockdown.", "luganda": "Abasuubuzi b'omu butale baabalagira okusula mu butale mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "Most of the companies employ people within the community.", "luganda": "Kampuni ezisinga obungi zikozesa bantu ba mu kitundu." }, { "english": "The doctors advise people to include vegetables on every meal.", "luganda": "Abasawo bakubiriza abantu okugattako enva endiirwa ku buli mmere." }, { "english": "My grandmother has a garden of mushrooms.", "luganda": "Jjajja wange alina ennimiro y'obutiko." }, { "english": "My young sister is afraid of investing in the farming business.", "luganda": "Muganda wange omuto atya okussa ssente mu bizineesi y'okulima." }, { "english": "He spent four hundred days in prison.", "luganda": "Yamala ennaku bina mu kkomera." }, { "english": "I have no choice but rather to eat what is available.", "luganda": "Sirina kya kukola nnina kulya kiriwo." }, { "english": "Most people want to employ people who are hard working.", "luganda": "Abantu abasinga obungi baagala okukozesa abantu abakozi ennyo." }, { "english": "This photograph shows you were giving a bribe to the traffic officer.", "luganda": "Ekifaananyi kino kiraga nti wali owa enguzi omusirikale w'ebidduka." }, { "english": "Uganda received more doses of coronavirus vaccines from America.", "luganda": "Uganda yafunye eddagala lya corona eddala okuva mu Amerika." }, { "english": "We shall buy snacks from the grocery store.", "luganda": "Tujja kugula obumpwakimpwaki okuva mu dduuka." }, { "english": "He has a business trip to China.", "luganda": "Agenda China ku nsonga za bizineesi." }, { "english": "All my family members did not accept my idea.", "luganda": "Ab'omu maka gange bonna tebakkirizza kirowoozo kyange." }, { "english": "The two Members of Parliament were arrested over the murder of people in Masaka.", "luganda": "Ababaka ba palamenti ababiri baakwatiddwa nga babalanga okwenyigira mu kutemula abantu e Masaka." }, { "english": "He fell off the ladder as he was building.", "luganda": "Yawanuse ku ddaala n'agwa ng'azimba." }, { "english": "The coronavirus disease started in China before spreading to the rest of the world.", "luganda": "Obulwadde bwa corona bwatandikira mu China nga tebunnasaasaana mu nsi yonna." }, { "english": "You should maintain good personal hygiene.", "luganda": "Olina okukuuma obuyonjo." }, { "english": "A person can contract coronavirus by touching surfaces where an infected person has touched.", "luganda": "Omuntu asobola okufuna obulwadde bwa corona singa akwata mu bifo omuntu abulina w'akutte." }, { "english": "My restaurant also offers catering services for parties.", "luganda": "Ekirabo kyange eky'emmere era kifumba n'emmere y'oku mikolo." }, { "english": "Few people went to the market during the lockdown.", "luganda": "Abantu batono abaagenda mu butale mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "People in Masaka district are living in fear following the recent killings.", "luganda": "Abantu b'omu Masaka bali mu kutya olw'ettemu eribaddewo gye buvuddeko." }, { "english": "My father sells meat in the market.", "luganda": "Taata wange atunda nnyama mu katale." }, { "english": "This disease is really scary.", "luganda": "Obulwadde buno butiisa." }, { "english": "My uncle bought food from the market.", "luganda": "Kojja wange yaguze emmere okuva mu katale." }, { "english": "My sister was selling fruits during the lockdown.", "luganda": "Muganda wange yatundanga bibala mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "She sang about gender-based violence in her new song.", "luganda": "Mu luyimba lwe olupya ayimba ku bikolwa eby'obukambwe ebikolebwa ku bantu ab'ekikula ekimu." }, { "english": "His mother sent him to the market to buy food.", "luganda": "Maama we yamutuma mu katale okugula emmere." }, { "english": "All students should have their lunch from the dining hall.", "luganda": "Abayizi bonna eky'emisana balina kukiriira mu kizimbe omuliirwa emmere." }, { "english": "The optician tested his eyesight.", "luganda": "Omusawo w'amaaso yakebedde amaaso ge." }, { "english": "My country is working towards establishing companies that produce imported goods so as to reduce its imports.", "luganda": "Ensi yange eri mu kaweefube wa kussaawo kampuni ezikola ebintu ebigulibwa mu nsi ez'ebweru ekendeeze ku muwendo gw'ebintu ebigulibwa okuva mu nsi ez'ebweru." }, { "english": "The musician was born in one thousand nine hundred sixty two.", "luganda": "Omuyimbi oyo yazaalibwa mu lukumi mu lwenda nkaaga mu ebiri." }, { "english": "How much does it cost to get signed to a record label?", "luganda": "Kyetaagisa ki okuteekebwa ku alubaamu y'ennyimba?" }, { "english": "He won an award for the best male artist of the year.", "luganda": "Yawangudde awaadi ey'omuyimbi omusajja asinze mu mwaka." }, { "english": "His friend is a minister of the gospel.", "luganda": "Mukwano gwe mubuulizi wa njiri." }, { "english": "The musician died in a car accident.", "luganda": "Omuyimbi yafiiridde mu kabenje k'emmotoka." }, { "english": "My grandmother succumbed to breast cancer.", "luganda": "Maama wange yafa kookolo w'amabeere." }, { "english": "He was one of the best known and most respected singers in Uganda.", "luganda": "Yali omu ku bayimbi abaatiikirivu era abassibwamu ekitiibwa mu Uganda." }, { "english": "My brother started his singing career at the age of five years.", "luganda": "Muganda wange yatandika okuyimba nga wa myaka etaano." }, { "english": "Three Ugandan-based singers will collaborate on a song to raise money for the cancer institute.", "luganda": "Abayimbi Bannayuganda basatu bajja kwegatta bayimbe okukungaanya ssente ez'okuyamba abalwadde ba kookolo ." }, { "english": "God is very faithful.", "luganda": "Katonda mwesigwa nnyo." }, { "english": "Many elderly people have died due to complications from the pandemic.", "luganda": "Abantu bangi abakuze mu myaka bafudde olw'obuzibu bwe bafunye olw'ekirwadde." }, { "english": "His songs are played on many radio stations across the country.", "luganda": "Ennyimba ze bazizannya ku mikutu gya leediyo mingi mu ggwanga." }, { "english": "He wants to work with that hospital.", "luganda": "Ayagala kukola mu ddwaliro eryo." }, { "english": "The leader was born thirty five years back.", "luganda": "Omukulembeze yazaalibwa emyaka asatu mu etaano emabega." }, { "english": "She sang many educative songs.", "luganda": "Yayimba ennyimba nnyingi ez'amakulu." }, { "english": "Our family asked the police to investigate my father's mysterious death.", "luganda": "Ab'enganda zange baasaba poliisi enoonyereze ku nfa ya taata wange etaategeerekeka." }, { "english": "I enjoy listening to instrumental music.", "luganda": "Njagala nnyo okuwuliriza ennyimba ez'obudongo." }, { "english": "She preached the Christian gospel to the people in his hometown.", "luganda": "Yabuulira abantu b'oku kyalo gy'azaalwa enjiri." }, { "english": "We have several gospel artists in Uganda.", "luganda": "Mu Uganda tulina abayimbi bangi abayimba ennyimba z'eddiini." }, { "english": "He used to sing with a local church choir in their village.", "luganda": "Yateranga okuyimbira mu kwaya y'ekkanisa ey'oku kyalo kyabwe." }, { "english": "Please isolate yourself if you are infected with the virus.", "luganda": "Bw'okwatibwa obulwadde obwo weeyawule ku balala." }, { "english": "Prominent people in our country have succumbed to that deadly disease.", "luganda": "Abantu abatutumufu mu ggwanga lyaffe bafudde ekirwadde ekyo eky'omutawaana." }, { "english": "There were very many people at the leader's burial in Mubende district.", "luganda": "Waabaddewo abantu bangi mu kuziika omukulembeze mu disitulikiti y'e Mubende." }, { "english": "At the fashion show people design clothes and showcase their new designs.", "luganda": "Ku mwoleso gw'engoye abantu boolesa emisono gyabwe emipya." }, { "english": "She owns the best fashion shop in our village.", "luganda": "Ye nnannyini dduuka ly'engoye erisingayo obulungi ku kyalo kyaffe." }, { "english": "An international organization organized fashion and design competitions among the youth in Uganda.", "luganda": "Ekibiina eky'ensi yonna kyategese empaka z'emisono gy'engoye ez'abavubuka mu Uganda." }, { "english": "We have many mixed-race people in our village.", "luganda": "Tulina abantu aba langi ez'enjawulo bangi ku kyalo kyaffe." }, { "english": "Barkcloth is a traditional wear for several tribes in Uganda.", "luganda": "Amawanga agatali gamu mu Uganda embugo kye kyambalo kyago eky'ekinnaansi." }, { "english": "Everyone wondered where he got the idea of designing clothes from barkcloth.", "luganda": "Buli omu yeebuuzizza wa gye yaggya ekirowoozo eky'okutunga engoye mu mbugo." }, { "english": "That jacket is made of thick leather.", "luganda": "Ekikooti ekyo baakikola mu ddiba eggumu." }, { "english": "He challenged his friends in the discussion.", "luganda": "Bwe baabadde bakubaganya ebirowoozo yasoomoozezza mikwano gye." }, { "english": "My children put on raincoats whenever it rains.", "luganda": "Abaana bange bambala ebikooti by'enkuba buli nkuba lw'etonnya." }, { "english": "My grandmother was buried in barkcloth.", "luganda": "Jjajja wange baamuziika mu mbugo." }, { "english": "The deceased had wounds on his back.", "luganda": "Omugenzi yabadde n'ebiwundu ku mugongo." }, { "english": "He made beautiful curtains from a fabric got from barkcloth.", "luganda": "Yakoze mu mbugo entimbe ezirabika obulungi." }, { "english": "Barkcloth is a traditional cloth made in Uganda", "luganda": "Embugo ngoye za kinnansi ezikolebwa mu Uganda" }, { "english": "Barkcloth is used for making crafts and wall hangings.", "luganda": "Embugo zikozesebwa mu kukola eby'emikono n'eby'okutimba." }, { "english": "To make a barkcloth the inner bark of a fig tree is beaten until it is soft.", "luganda": "Okusobola okukola embuga ekikuta eky'omunda eky'omuti gw'omutiini kikubibwa okutuusa lwe kigonda." }, { "english": "Barkcloth is mainly used during cultural gatherings.", "luganda": "Embugo okusingira ddala zikozesebwa ku mikolo gy'obuwangwa." }, { "english": "She put on a traditional dress made from barkcloth during the beauty pageant.", "luganda": "Yayambala olugoye olwakolebwa mu lubugo mu mwoleso gw'emisono gy'engoye." }, { "english": "In the past the use of barkcloth was limited to the royal family.", "luganda": "Mu biseera by'edda ab'olulyo olulangira be baayambalanga embugo." }, { "english": "Barkcloth fabric is made from the fig tree.", "luganda": "Embugo zikolebwa mu muti gw'ettiini." }, { "english": "All schools remained closed after the lockdown.", "luganda": "Amasomero gonna gaasigala maggale oluvannyuma lw'omuggalo." }, { "english": "That organization has three heritage sites in Uganda.", "luganda": "Ekibiina ekyo kirina ebifo by'obuwangwa bisatu mu Uganda." }, { "english": "My father said he doesn't want to be buried in barkcloth when he dies.", "luganda": "Taata wange yagamba nti tayagala kuziikibwa mu mbugo ng'afudde." }, { "english": "Chiefs would routinely be buried in as many as one hundred fifty pieces of barkcloth.", "luganda": "Abaami b'ekyalo baateranga okuziikibwanga mu mbugo nga kikumi mu ataano." }, { "english": "He was taken to a traditional healer when he fell sick.", "luganda": "Bwe yalwala yatwalibwa ku musawo w'ekinnansi." }, { "english": "We visited many historical places during the school tour.", "luganda": "Bwe twali tugenze okulambula ng'essomero twalambula ebifo bingi eby'ebyafaayo." }, { "english": "He sells hats made from backcloth fabric.", "luganda": "Atunda enkofiira ezikoleddwa mu mbugo." }, { "english": "There are many successful young farmers these days.", "luganda": "Waliwo abalimi abato bangi abafunye mu kulima." }, { "english": "We presented gifts to the priest at his farewell party.", "luganda": "Omubuulizi twamuwadde ebirabo ku kabaga ak'okumusiibula." }, { "english": "The author of that book wrote about the rise and fall of that kingdom.", "luganda": "Omuwandiisi w'ekitabo ekyo yawandiika ku kututumuka n'okugwa kw'obwakabaka obwo." }, { "english": "God is good and that is His nature.", "luganda": "Katonda mulungi era bw'atyo bw'ali." }, { "english": "Ethiopia is the only uncolonized country in Sub-Saharan Africa.", "luganda": "Eggwanga lya Esiyopiya lye ggwanga lyokka mu bukiikaddyo bw'eddungu Sahara eritaafugibwa bafuzi b'amatwale." }, { "english": "Cotton is one of the major cash crops in Uganda.", "luganda": "Pamba kye kimu ku birime Uganda by'esinga okufunamu ssente." }, { "english": "Christian missionaries converted many people from paganism and Islam into Christianity.", "luganda": "Abaminsani Abakristaayo baakyusa abantu bangi ne bava mu madiini g'ekinnansi ne mu Busiraamu ne bayingira Obukristaayo." }, { "english": "The war in that country lasted for five years.", "luganda": "Olutalo lwamala emyaka etaano mu ggwanga eryo." }, { "english": "My grandfather was one of the National Resistance Movement soldiers.", "luganda": "Taata wange yali omu ku basirikale ba National Resistance Movement." }, { "english": "She has a beautiful bottle.", "luganda": "Alina ecupa ennungi." }, { "english": "The fashion industry is starting to thrive again.", "luganda": "Ekisaawe ky'emisono kitandise okusituka nate." }, { "english": "The decoration on his wedding was blended with barkcloth fabrics.", "luganda": "Mu bye baatimba ku mukolo gwe ogw'embaga baatobekamu embugo." }, { "english": "That district is in the central region of Uganda.", "luganda": "Disitulikiti eyo esangibwa mu kitundu ky'omu massekkati ga Uganda." }, { "english": "We will harvest beans from our farm next month.", "luganda": "Omwezi ogujja tujja kukungula ebijanjaalo okuva mu nnimiro yaffe." }, { "english": "That is the largest town in our region.", "luganda": "Ako ke kabuga akasingayo obunene mu kitundu kyaffe." }, { "english": "The country has lost valuable tree species to deforestation.", "luganda": "Eggwanga lifiiriddwa ebika by'emiti eby'omuwendo ennyo olw'okutemebwa kw'emiti." }, { "english": "The organization gave people capital to start up their own businesses.", "luganda": "Ekibiina kyawa abantu ssente ezitandikirwako basobole okwetandikirawo bizineesi ezaabwe ku bwabwe." }, { "english": "A baby has a delicate skin.", "luganda": "Olususu lw'omwana omuwere luba lwa kwegendereza." }, { "english": "I used banana leaves to prepare lunch.", "luganda": "Nnakozesezza ndagala okuteekateeka eky'emisana." }, { "english": "That type of tree is very rare to find.", "luganda": "Omuti ogwo si mwangu kusanga." }, { "english": "I boiled rice for thirty minutes.", "luganda": "Omuceere nnagufumbidde eddakiika asatu." }, { "english": "It took us several hours to finish the task.", "luganda": "Kyatutwalidde essaawa eziwerako okumaliriza omulimu." }, { "english": "My favorite color is brown.", "luganda": "Kitaka ye langi gye nsinga okwagala." }, { "english": "My mother deals in the sale of barkcloth products.", "luganda": "Maama wange atunda bintu bikoleddwa mu mbugo." }, { "english": "She was smart and elegant in a dress made from barkcloth fabric.", "luganda": "Yanyumidde mu lugoye olwakolebwa mu mbugo." }, { "english": "My sister is an international fashion designer.", "luganda": "Muganda wange ayiiya emisono gy'engoye ku kigero eky'ensi yonna." }, { "english": "That fashion show takes place in July annually.", "luganda": "Omwoleso gw'emisono ogwo gubaawo mu mwezi gw'omusanvu buli mwaka." }, { "english": "My friend put on an expensive outfit.", "luganda": "Mukwano gwange yayambadde olugoye olw'ebbeeyi." }, { "english": "That casual jacket costs thirty thousand Ugandan shillings.", "luganda": "Ekikooti ekyo kigula emitwalo esatu egya Uganda." }, { "english": "My mother put on a linen dress last Sunday.", "luganda": "Ku Ssande ewedde maama wange yayambala ekiteeteeyi ekya kitaani." }, { "english": "That local organization has sponsored women in the development of vocational skills.", "luganda": "Ekibiina ekyo ekya kuno kiyambye abakyala bangi okuyiga emirimu egy'emikono." }, { "english": "He sells good quality shoes.", "luganda": "Engatto z'atunda nnungi." }, { "english": "The conference will take place next week in London.", "luganda": "Olukungaana lujja kubaawo wiiki ejja mu London." }, { "english": "Those big trucks are used for garbage collection.", "luganda": "Ebimotoka ebyo ebinene bikozesebwa kukungaanya kasasiro." }, { "english": "I am delighted that you arrived safely.", "luganda": "Nsanyuse okuba nti watuuse bulungi." }, { "english": "The two leaders held a meeting to discuss the development of their regions.", "luganda": "Abakulembeze ababiri baafunye olukungaana okwogera ku nkulaakulana mu kitundu kyabwe." }, { "english": "Barkcloth Fabric is exported to foreign countries.", "luganda": "Embugo zitundibwa mu mawanga ag'ebweru." }, { "english": "His body resisted the medication.", "luganda": "Omubiri gwe gwagaanye eddagala." }, { "english": "That dress costs eighty thousand Ugandan shillings.", "luganda": "Ekiteeteeyi ekyo kigula emitwalo munaana mu za Uganda." }, { "english": "Materials from barkcloth are very expensive.", "luganda": "Olugoye olukoleddwa mu mbugo baluseera nnyo." }, { "english": "She bought a shirt for her husband at one hundred thousand Ugandan shillings.", "luganda": "Yagulira omwami we esaati ya mitwalo kkumi." }, { "english": "Her designs are unique and rare to find.", "luganda": "Emisono gye gya njawulo era tegisangikasangika." }, { "english": "The gift of life that God gave us is incomparable.", "luganda": "Ekirabo ky'obulamu Katonda kye yatuwa tekigeraageranyizika." }, { "english": "Do not cut down those trees.", "luganda": "Totema miti egyo." }, { "english": "All the outfits are unique.", "luganda": "Engoye zonna za njawulo." }, { "english": "She is used to living a luxurious life.", "luganda": "Amanyidde obulamu obw'okwejalabya." }, { "english": "The rescue team used a special device to remove the people who were trapped in a collapsed building.", "luganda": "Abaduukirize baakozesezza ebyuma eby'enjawulo okuggyayo abantu abaabadde mu kizimbe ekyagudde." }, { "english": "He was crowned the king in one thousand nine hundred ninety three.", "luganda": "Yatikkirwa okuba kabaka mu lukumi mu lwenda kyenda mu esatu." }, { "english": "The leader felt humbled by the local community's generosity and support.", "luganda": "Omukulembeze yasiimye nnyo omwoyo omugabi n'obuwagizi abantu b'omu kitundu bye baamulaze." }, { "english": "I am not a citizen of that country so I can't vote for you.", "luganda": "Siri mutuuze wa nsi eyo n'olwekyo sisobola kukulonda." }, { "english": "The situation will get better soon.", "luganda": "Embeera eneetera okutereera." }, { "english": "They were many music performances that night.", "luganda": "Baayimba ennyimba nnyingi ekiro ekyo." }, { "english": "The awarding ceremony was very organized.", "luganda": "Omukolo gw'okugaba awaadi gwali mutegeke bulungi." }, { "english": "The committee prepared different categories of awards to be won that day.", "luganda": "Akakiiko kaategeka awaadi ez'ebiti ebitali bimu ezaali ez'okuwangulwa ku lunaku olwo." }, { "english": "She was the best artist in her category.", "luganda": "Ye muyimbi eyasinga mu kiti ky'abayimbi mw'agwa." }, { "english": "He is one of the most talented music producers in the country.", "luganda": "Y'omu ku bafulumya ennyimba abasinga obukugu mu ggwanga." }, { "english": "The best songs were nominated for the awards.", "luganda": "Ennyimba ezisingayo okunyuma ze zaalondeddwa okufuna awaadi." }, { "english": "I wish I knew everything about music production.", "luganda": "Singa nnali mmanyi byonna ebikwata ku kufulumya ennyimba." }, { "english": "We watched an online music performance yesterday.", "luganda": "Twalabye ekivvulu ky'abayimbi ku intaneeti jjo." }, { "english": "Some people are ignorant about online music shows.", "luganda": "Abantu abamu tebamanyi bikwata ku bivvulu by'abayimbi eby'oku yintaneeti." }, { "english": "The singer has released a new album today.", "luganda": "Omuyimbi afulumizza alubaamu empya leero." }, { "english": "Music events are full of entertainment.", "luganda": "Ebivvulu by'ennyimba bibaamu amasanyu mangi." }, { "english": "Majority of the youths like her new song.", "luganda": "Abavubuka bangi baagala nnyo oluyimba lwe olupya." }, { "english": "There are many comedians in the country.", "luganda": "Bannakatemba bangi mu ggwanga." }, { "english": "Due to the prevailing pandemic musicians have made very many losses.", "luganda": "Olw'ekirwadde ekigenda mu maaso abayimbi bafiiriddwa ssente nnyingi." }, { "english": "The music industry has a number of sponsors all over the world.", "luganda": "Abayimbi baba n'abavvujjirizi bangi okwetooloola ensi." }, { "english": "There are many young talents in the music field.", "luganda": "Waliwo abayimbi bangi abato abalina ekitone mu kuyimba." }, { "english": "He is one of the rising stars in the music industry.", "luganda": "Y'omu ku bayimbi abagenda beekolera erinnya mu kisaawe ky'okuyimba." }, { "english": "The music fans enjoyed the live concert.", "luganda": "Abawagizi baanyumiddwa nnyo ekivvulu ky'abayimbi abayimba obutereevu." }, { "english": "We have choir practice at four o'clock tomorrow.", "luganda": "Tugenda kuba n'okwegezaamu okwa kwaya ku ssaawa kkumi enkya." }, { "english": "That school is one of the best missionary founded schools in Uganda.", "luganda": "Essomero eryo lye limu ku masomero agaatandikibwawo abaminsani mu Uganda agasingayo obulungi ." }, { "english": "He was my mathematics teacher in primary school.", "luganda": "Yali musomesa wange ow'okubala mu pulayimale." }, { "english": "The bishop was the guest speaker at the ceremony.", "luganda": "Bisoopu ye yabadde omugenyi omukulu ku mukolo." }, { "english": "Many people attended the funeral service.", "luganda": "Abantu bangi baabaddewo mu kuziika." }, { "english": "The government closed all churches due to the pandemic.", "luganda": "Gavumenti yaggalawo amasinzizo gonna olw'ekirwadde." }, { "english": "The mathematics teacher asked him a very simple question.", "luganda": "Omusomesa w'okubala yamubuuzizza ekibuuzo ekyangu ennyo." }, { "english": "My father served in that school for over twenty five years.", "luganda": "Taata wange yakola mu ssomero eryo okumala emyaka egisukka mu abiri mu etaano." }, { "english": "Physical exercises relax the mind.", "luganda": "Dduyiro awummuza ebirowoozo." }, { "english": "Our school has a variety of sports activities.", "luganda": "Essomero lyaffe lirina eby'emizannyo ebitali bimu." }, { "english": "I want to learn some cultural dances.", "luganda": "Njagala kuyigayo ku mazina g'ekinnansi." }, { "english": "Our former headteacher served for a long period of time.", "luganda": "Eyaliko omukulu w'essomero lyaffe yaweereza okumala ekiseera kiwanvu." }, { "english": "She converted many people to Christianity.", "luganda": "Yaleetera abantu bangi okufuuka Abakristaayo." }, { "english": "It is good to love whatever you do.", "luganda": "Kirungi okwagala buli kimu ky'okola." }, { "english": "I know a few verses from the Bible.", "luganda": "Mmanyiiyo ennyiriri ntono mu Bayibuli." }, { "english": "Christians are called upon to offer support to the needy.", "luganda": "Abakristaayo bakubirizibwa okuyamba abali mu bwetaavu." }, { "english": "I like my brother's behavior.", "luganda": "Njagala engeri muganda wange gye yeeyisaamu." }, { "english": "He is in love with a born again woman.", "luganda": "Ali mu mukwano n'omukazi omulokole." }, { "english": "It is good to help the needy whenever possible.", "luganda": "Kirungi okuyamba abali mu bwetaavu buli lwe kiba kisoboka." }, { "english": "She always inquired about unknown faces around the office premises.", "luganda": "Yabuuzanga ebikwata ku bantu b'atamanyi abaabanga bazze ku bizimbe bya ofiisi." }, { "english": "The matron used to walk around the dormitory at night to ensure that the girls don't get into danger.", "luganda": "Ekiro metulooni yateranga okulambula ebisulo okukakasa nti abawala tebafuna buzibu bwonna." }, { "english": "I forgot my former headteacher's name.", "luganda": "Nneerabira erinnya ly'eyaliko omukulu w'essomero lyange." }, { "english": "The priest advised Christians to protect themselves from evil.", "luganda": "Omubuulizi yakubiriza Abakristaayo okwewala okukola ebintu ebibi." }, { "english": "There were very many preachers in today's service.", "luganda": "Ababuulizi babadde bangi mu mmisa ya leero." }, { "english": "The school has given out bursaries to needy children.", "luganda": "Essomero ligenda kusasulira abaana abali mu bwetaavu." }, { "english": "Our school management committee has contributed to the construction of a new football field.", "luganda": "Akakiiko akaddukanya essomero lyaffe kawaddeyo ssente okuyambako mu kuzimba ekisaawe ky'omupiira ekipya." }, { "english": "The school nurtured many prominent people in the country.", "luganda": "Abantu bangi abatutumufu mu ggwanga baasomera mu ssomero eryo." }, { "english": "Why do you think men mistreat their wives?", "luganda": "Olowooza lwaki abasajja bayisa bubi bakazi baabwe?" }, { "english": "The school did not perform well in this year's national examinations.", "luganda": "Essomero teryakoze bulungi mu bibuuzo by'omwaka guno eby'akamalirizo." }, { "english": "Never give up in life.", "luganda": "Toggwaamu maanyi." }, { "english": "The wars led to the displacement of people.", "luganda": "Entalo zaaviirako abantu bangi okusenguka." }, { "english": "I won't leave this place today.", "luganda": "Sijja kuva mu kifo kino leero." }, { "english": "This is one of the best performing schools in the country.", "luganda": "Lino lye limu ku masomero agasinga okukola obulungi mu ggwanga." }, { "english": "She is a former student of that school.", "luganda": "Yaliko omuyizi mu ssomero eryo." }, { "english": "The former students of our school have formed an association.", "luganda": "Abaaliko abayizi mu ssomero lyaffe bakoze ekibiina ekibagatta." }, { "english": "The choir presented many songs at the concert.", "luganda": "Kwaya yayimbye ennyimba nnyingi ku mukolo." }, { "english": "The deceased has left a legacy.", "luganda": "Omugenzi alese omukululo." }, { "english": "His songs brought back the old memories.", "luganda": "Ennyimba ze zaatujjukiza ennaku ez'edda." }, { "english": "We took many photos yesterday.", "luganda": "Twekubisizza ebifaananyi bingi jjo." }, { "english": "The priest led the prayers during the burial ceremony.", "luganda": "Omubuulizi yakulembeddemu okusaba mu kuziika." }, { "english": "The choir leader for the function was a female.", "luganda": "Omukulembeze wa kwaya ku mukolo yabadde mukazi." }, { "english": "Many religious leaders attended the function.", "luganda": "Abakulu b'amadiini bangi baabaddewo ku mukolo." }, { "english": "She is an experienced choir leader.", "luganda": "Mukulembeze wa kwaya alina obumanyirivu." }, { "english": "The mourners were so touched by the message from the deceased's best friend.", "luganda": "Abakungubazi baakwatiddwako nnyo obubaka obwayogeddwa mukwano gw'omugenzi." }, { "english": "The former headteacher of that school attended the event.", "luganda": "Eyaliko omukulu w'essomero eryo yabaddewo ku mukolo." }, { "english": "His death occurred suddenly.", "luganda": "Yafudde mangu." }, { "english": "Leadership is a call from God.", "luganda": "Abakulembeze balondebwa Katonda." }, { "english": "I take my children for ice cream every weekend.", "luganda": "Buli wiikendi abaana bange mbatwala okulya ayisikuliimu." }, { "english": "Some employers mistreat their workers.", "luganda": "Abakozesa abamu bayisa bubi abakozi baabwe." }, { "english": "There is an increase in gender based violence these days.", "luganda": "Ennaku zino ebikolwa eby'obukambwe byeyongedde nnyo wakati w'abantu abatafaanaganya kikula." }, { "english": "He has mentored many journalists in the country.", "luganda": "Atendese bannamawulire bangi mu ggwanga." }, { "english": "That hospital has qualified medical doctors.", "luganda": "Eddwaliro eryo lirina abasawo abatendeke." }, { "english": "Have you bought today's newspapers?", "luganda": "Oguze amawulire g'olwa leero?" }, { "english": "This initiative will improve the standard of living for women in the country.", "luganda": "Kino kijja kutumbula embeera y'obulamu ey'abakazi mu ggwanga." }, { "english": "The village has lost a very important person.", "luganda": "Ekyalo kifiiriddwa omuntu ow'omugaso ennyo." }, { "english": "The leader was buried with great honor.", "luganda": "Omukulembeze baamuziikidde mu bitiibwa." }, { "english": "Most of his words were educative.", "luganda": "Ebisinga obungi ku bigambo bye byalimu eby'okuyiga." }, { "english": "The village has lost many valuable people.", "luganda": "Ekyalo kifiiriddwa abantu bangi ab'omugaso." }, { "english": "Many people attended my uncle's burial.", "luganda": "Abantu bangi baaliwo mu kuziika kojja wange." }, { "english": "Our country has many experienced journalists.", "luganda": "Ensi yaffe erina bannamawulire bangi abalina obumanyirivu." }, { "english": "My sister encouraged me to study journalism.", "luganda": "Muganda wange yankubiriza okusomerera eby'amawulire." }, { "english": "My passport is expired it needs to be renewed.", "luganda": "Pasipoota yange yaggwaako yeetaaga okuzza obuggya." }, { "english": "There is a high interest in adventure among the youths.", "luganda": "Abavubuka bangi baagala nnyo okulambula ebifo." }, { "english": "This project is sponsored by a certain media station.", "luganda": "Omulimu guno guvvujjirirwa mukutu gwa mpuliziganya ogumu." }, { "english": "The media facilitates the flow of information all over the country.", "luganda": "Emikutu gy'empuliziganya gisobozesa obubaka okutuuka ku bantu mu ggwanga lyonna." }, { "english": "This project is sponsored by a foreign country.", "luganda": "Omulimu guno guvvujjirirwa ggwanga lya bweru." }, { "english": "The awarding ceremony took place last week.", "luganda": "Omukolo gw'okugaba awaadi gwaliwo wiiki ewedde." }, { "english": "Most journalists in our country are males.", "luganda": "Bannamawulire abasinga obungi mu ggwanga lyaffe basajja." }, { "english": "The journalists had a nine-month training program to equip them with more skills.", "luganda": "Bannamawulire baalina omusomo gwa myezi mwenda okubayamba okwongera okukuguka mu mulimu gwabwe." }, { "english": "Uganda is a member of the African Union.", "luganda": "Uganda y'emu ku mawanga agali mu mukago ogugatta amawanga ga Afirika." }, { "english": "In last year's media awards the best news anchor was a female.", "luganda": "Omwaka oguwedde eyawangula awaadi y'omusomi w'amawulire asinga yali mukazi." }, { "english": "Some journalists have poor relationship skills.", "luganda": "Bannamawulire abamu tebamanyi ngeri ya kukwatamu bantu." }, { "english": "Our company needs more skilled manpower to produce quality services.", "luganda": "Kampuni yaffe yeetaaga abakozi abakugu okwongera ku mutindo gw'empeereza." }, { "english": "That company has lost a great man.", "luganda": "Kampuni eyo efiiriddwa omusajja ow'omugaso ennyo." }, { "english": "She has worked with media companies for a long time.", "luganda": "Akoze ne kampuni z'amawulire okumala ebbanga ddene." }, { "english": "There is only one radio station in our town.", "luganda": "Akabuga kaffe kalimu omukutu gwa leediyo gumu gwokka." }, { "english": "He is one of the best news editors in the country.", "luganda": "Y'omu ku basengesi b'amawulire abasingayo obulungi mu ggwanga." }, { "english": "This man has worked with several companies in various departments.", "luganda": "Omusajja ono akoledde kampuni nnyingi mu bitongole eby'enjawulo." }, { "english": "My sister works with a marketing company.", "luganda": "Muganda wange akola ne kampuni entunzi." }, { "english": "The journalists had a workshop yesterday.", "luganda": "Bannamawulire baabadde n'omusomo jjo." }, { "english": "We both served as security officers in that company for many years.", "luganda": "Ffembi twakolako ng'abakuumi mu kampuni eyo okumala emyaka mingi." }, { "english": "His kindness has made him a great man.", "luganda": "Ekisa kye kimufudde omusajja omulungi ennyo." }, { "english": "This is her first time traveling by aeroplane.", "luganda": "Guno gwe mulundi gwe ogusoose okutambulira mu nnyonyi." }, { "english": "Most of the students in her class failed mathematics.", "luganda": "Abaana abasinga mu kibiina kye baagudde okubala." }, { "english": "Some children are forced into child labour.", "luganda": "Abaana abamu bakakibwa okukola nga tebanneetuuka." }, { "english": "He showed how the organization had progressed over the last decade.", "luganda": "Yalaze engeri ekibiina gye kikulaakulanyeemu mu myaka ekkumi egiyise." }, { "english": "She feared that the pandemic might be a huge setback for the company.", "luganda": "Yatya nti ekirwadde kigenda kuzza kampuni emabega." }, { "english": "Unemployment is one of the major causes of poverty.", "luganda": "Abantu obutaba na mirimu kye kimu ku bintu ebisinga okuleeta obwavu." }, { "english": "Many people acquire loans to start businesses.", "luganda": "Abantu bangi beewola ssente okusobola okutandikawo bizineesi." }, { "english": "Parents should always make time for their children.", "luganda": "Abazadde basaanidde okufunangayo akadde okubeerako n'abaana baabwe." }, { "english": "Poverty is one of the major causes of child labour.", "luganda": "Obwavu kye kimu ku bintu ebireetera abaana okutandika okukola nga tebanneetuuka." }, { "english": "She complained that she was being overworked.", "luganda": "Yeemulugunya nti baali bamukozesa nnyo." }, { "english": "Employers should ensure their places of work are safe for employees.", "luganda": "Abakozesa basaanidde okukakasa nti ebifo abakozi baabwe we bakolera si bya bulabe eri abakozi baabwe." }, { "english": "Everyone heard the announcement.", "luganda": "Buli omu yawulidde ekirango." }, { "english": "There are many healthy ways to deal with grief.", "luganda": "Waliwo engeri nnyingi ezitali za bulabe eri obulamu gye tusobola okwangangamu ennaku gye tufuna nga tufiiriddwa omuntu waffe." }, { "english": "Many young parents have been strained by the pandemic.", "luganda": "Abazadde bangi abato banyigiriziddwa nnyo ekirwadde." }, { "english": "She discouraged young girls from being involved in sex work.", "luganda": "Yakubiriza abawala abato okwewala okukola obwamalaaya." }, { "english": "He said parents participating in child labour would be arrested.", "luganda": "Yagamba nti abazadde abakozesa emirimu abaana abatanneetuuka bajja kukwatibwa." }, { "english": "My daughter is excited about the reopening of schools.", "luganda": "Muwala wange yeesunga nnyo amasomero lwe gannaggulwa." }, { "english": "All countries' economies have been affected by the pandemic.", "luganda": "Eby'enfuna by'amawanga gonna bikoseddwa ekirwadde." }, { "english": "The school fees were increased because of the pandemic.", "luganda": "Ebisale by'amasomero byayongezebwa olw'ekirwadde." }, { "english": "The government advised the students to revise their books while at home.", "luganda": "Gavumenti yakubiriza abayizi okusoma ebitabo byabwe nga bali waka." }, { "english": "The government said there will be more jobs available to graduates next year.", "luganda": "Gavumenti yagamba nti omwaka ogujja wajja kubaawo emirimu mingi eri abo abaamaliriza emisomo gyabwe." }, { "english": "Many children have to walk to and from school.", "luganda": "Abaana bangi batambuza bigere okugenda n'okuva ku ssomero." }, { "english": "Misdiagnosis is common in health centers in rural areas.", "luganda": "Obulwaliro mu byalo butera okukebera abalwadde ebintu ebikyamu nga bagenze okubakebera." }, { "english": "The district leaders held a meeting to settle the land disputes.", "luganda": "Abakulembeze ba disitulikiti baafunye olukungaana okugonjoola ensonga z'ettaka." }, { "english": "More than ten people participated in the race.", "luganda": "Abantu abasukka mu kkumi beenyigidde mu mpaka." }, { "english": "She prayed that her husband would be the next president.", "luganda": "Yali ayagala omwami we okuba pulezidenti." }, { "english": "This is the most popular political party in the country.", "luganda": "Kino kye kibiina ky'obufuzi ekisinga okumanyibwa mu ggwanga." }, { "english": "She refused to participate in the election.", "luganda": "Yagaana okwenyigira mu kulonda." }, { "english": "He is the leader of those rebels.", "luganda": "Y'akulira abayeekera abo." }, { "english": "The participants' names were listed in alphabetical order.", "luganda": "Amannya g'abeenyigiddemu gaasengekeddwa nga bwe gagenda gaddiringana." }, { "english": "They have been friends for many years now.", "luganda": "Bamaze emyaka mingi nga ba mukwano." }, { "english": "She is a friend to my mother.", "luganda": "Mukwano gwa maama wange." }, { "english": "They are both teachers at my school.", "luganda": "Bombi basomesa ku ssomero lyange." }, { "english": "He graduated from the university two years ago.", "luganda": "Yamaliriza emisomo gye egya yunivasite emyaka ebiri emabega." }, { "english": "His opponent dropped out of the science competition the night before.", "luganda": "Eyali amuvuganya yawanduka mu mpaka za ssaayansi eggulo limu." }, { "english": "World War One led to the loss of so many innocent lives.", "luganda": "Ssematalo eyasooka yafiiramu abantu bangi abatalina musango." }, { "english": "He was recognized as an outstanding performer.", "luganda": "Yasiimibwa olw'okukola obulungi ennyo." }, { "english": "She was fired and replaced with her secretary.", "luganda": "Yagobwa ku mulimu mu kifo kye ne bazzaawo omuwandiisi we." }, { "english": "That seat has been reserved for the First Lady.", "luganda": "Ekifo ekyo bakitegekedde mukyala wa pulezidenti." }, { "english": "The people in her village say she has contributed a lot to empower women.", "luganda": "Abantu ku kyalo kye bagamba nti ayambye nnyo mu kutumbula embeera z'abakyala." }, { "english": "He told the journalists that he had been falsely accused of murder.", "luganda": "Yagamba bannamawulire nti bamusibako omusango gw'obutemu." }, { "english": "He has always had good relationships with his employers.", "luganda": "Abaddenga akolagana bulungi n'abamukozesa." }, { "english": "This town has both murram and tarmac roads.", "luganda": "Akabuga kano kalimu enguudo z'ettaka n'eza mwasa njala." }, { "english": "Good road networks promote the growth of agriculture.", "luganda": "Enguudo ennungi zireetawo enkulaakulana mu by'obulimi." }, { "english": "This organization gives out university scholarships annually.", "luganda": "Ekibiina kino kigaba sikaala za yunivasite buli mwaka." }, { "english": "He is known as a city tycoon.", "luganda": "Amanyiddwa ng'omugagga w'omu kibuga." }, { "english": "New companies create new employment opportunities.", "luganda": "Kampuni empya zitondawo emirimu emipya." }, { "english": "He asked his former girlfriend to give him another chance.", "luganda": "Yasaba eyaliko muganzi we okumuwaayo akakisa akalala." }, { "english": "She must work hard because she has strong opponents.", "luganda": "Alina okukola ennyo kubanga abamuvuganya ba maanyi." }, { "english": "Everyone was working hard to prove their worth to the company.", "luganda": "Buli omu yali akola nnyo okukakasa nti wa mugaso nnyo eri kampuni." }, { "english": "That candidate was disqualified for bribing voters.", "luganda": "Oyo eyali yeesimbyewo yasazibwamu olw'okugulirira abalonzi." }, { "english": "He finished the marathon although he was in the last place.", "luganda": "Yamazeeko embiro wadde nga ye yakwebedde." }, { "english": "We were given enough time to prepare for the examination.", "luganda": "Baatuwa obudde obumala okwetegekera ebigezo." }, { "english": "They didn't have enough time to campaign.", "luganda": "Tebaafuna budde bumala kunoonya kalulu." }, { "english": "He came in third place with thirty votes.", "luganda": "Yakwata kya kusatu n'obululu asatu." }, { "english": "He could not afford to pay for the class party.", "luganda": "Teyalina ssente za kusasulira kabaga ka kibiina." }, { "english": "The political party did not have a candidate to represent them in the local council one election.", "luganda": "Ekibiina ky'obufuzi tekyalina wa kusimbawo ku kifo ky'obwa ssentebe w'ekyalo." }, { "english": "School fees are a major issue for most parents.", "luganda": "Abazadde abasinga obungi tekibanguyira kufuna fiizi za ssomero." }, { "english": "She asked people to donate some money for her treatment.", "luganda": "Yasaba abantu okumusonderako ssente asobole okufuna obujjanjabi." }, { "english": "No one showed up at her birthday party.", "luganda": "Tewali n'omu yajja ku kabaga k'amazaalibwa ge." }, { "english": "This organization donates clothes and food to those in need.", "luganda": "Ekibiina kino kigabira abantu abali mu bwetaavu engoye n'emmere." }, { "english": "He joined this school last year.", "luganda": "Yeegatta ku ssomero lino omwaka oguwedde." }, { "english": "He has done a lot of voluntary work in the community.", "luganda": "Akoze emirimu gy'obwannakyewa mingi mu kitundu." }, { "english": "They voted for him because they thought he would win.", "luganda": "Baamulonda olw'okuba baali balowooza nti ajja kuwangula." }, { "english": "Those two are brothers.", "luganda": "Abo bombi ba luganda." }, { "english": "He has been in office for a year.", "luganda": "Ofiisi agimazeemu omwaka gumu." }, { "english": "He performed well in the Olympics.", "luganda": "Yakola bulungi mu mpaka za Olimpiki." }, { "english": "Both my teammates won their competitions.", "luganda": "Bannange bombi baawangudde empaka ze baabaddemu." }, { "english": "The list of the candidates and the votes they got was pinned up on the school notice board.", "luganda": "Olukalala lw'abeesimbyewo n'obululu bwe baafunye byatimbiddwa we batimba ebiwandiiko ku ssomero." }, { "english": "The army was deployed in Somalia.", "luganda": "Baayungudde amagye mu Somalia." }, { "english": "All ambassadors to Uganda met with the president at the statehouse.", "luganda": "Ababaka b'amawanga amalala bonna mu Uganda baasisinkanye pulezidenti mu maka g'obwa pulezidenti." }, { "english": "The speaker of parliament advised all leaders to be exemplary.", "luganda": "Sipiika wa palamenti yakubirizza abakulembeze bonna okuba ekyokulabirako." }, { "english": "The flag was flown at half-mast in respect of the lives that were lost in yesterday's bombing.", "luganda": "Bbendera zaabadde zeewuubira wakati ng'eggwanga likungubagira abantu abaafudde bbomu jjo." }, { "english": "The country mourned its late president.", "luganda": "Eggwanga lyakungubagidde pulezidenti waalyo eyafudde." }, { "english": "The army general was killed in the war.", "luganda": "Omukulu w'eggye yafiiridde mu lutalo." }, { "english": "A monument was built in remembrance of the national heroes.", "luganda": "Ekijjukizo kyazimbibwa okujjukira abazira b'eggwanga." }, { "english": "He came to the wedding with his wife and children.", "luganda": "Yajja ku mbaga ng'ali wamu ne mukazi we n'abaana be." }, { "english": "He is one of the most important people in attendance.", "luganda": "Y'omu ku bagenyi abakulu abali ku mukolo guno." }, { "english": "The girl said she hopes to resume school next year.", "luganda": "Omuwala yagambye nti asuubira okuddamu okusoma omwaka ogujja." }, { "english": "The band leader addressed the audience at the end of the concert.", "luganda": "Akulira bbandi yayogeddeko eri abantu oluvannyuma lw'ekivvulu." }, { "english": "His death shocked all his friends.", "luganda": "Okufa kwe kwakubye mikwano gye gyonna encukwe." }, { "english": "The doctor said overweight people are at a high risk of hypertension.", "luganda": "Omusawo yagambye nti kyangu abantu abanene ennyo okufuna obulwadde bw'entununsi." }, { "english": "The children were sad when their mother traveled abroad.", "luganda": "Abaana baali banakuwavu maama waabwe bwe yagenda mu nsi z'ebweru." }, { "english": "He said commitment is one of the most important attributes in a workplace.", "luganda": "Yagamba nti obumalirivu kye kimu ku bintu ebisinga obukulu ku mulimu." }, { "english": "That politician was diagnosed with stomach cancer.", "luganda": "Munnabyabufuzi baamuzuddemu kookolo w'omu lubuto." }, { "english": "Her father is a policeman.", "luganda": "Taata we mupoliisi." }, { "english": "He is dearly loved by his colleagues.", "luganda": "Mikwano gye gimwagala nnyo." }, { "english": "At his farewell party the managing director said his departure is a great loss to the whole company.", "luganda": "Ku kabaga ak'okumusiibula omukulu wa kampuni yagambye nti okugenda kwe kukosezza nnyo kampuni yonna." }, { "english": "The soldiers were thanked for their sacrifice.", "luganda": "Abasirikale beebaziddwa nnyo olw'omwoyo ogw'okwefiiriza." }, { "english": "Burundi is a small country.", "luganda": "Ensi ya Burundi ntono nnyo." }, { "english": "Many countries came together to fight the rebels in North Africa.", "luganda": "Amawanga mangi geegatta wamu okulwanyisa abayeekera mu Bukiikakkono bwa Afirika." }, { "english": "The police was told to be on the lookout for human trafficking.", "luganda": "Poliisi baagigamba okuba obulindaala olw'abantu abakukusa abantu." }, { "english": "The bishop's burial ceremony will take place at his home tomorrow.", "luganda": "Omukolo gw'okuziika bisoopu gujja kuba mu maka ge enkya." }, { "english": "The final basketball match will take place on Saturday.", "luganda": "Empaka z'ensero ez'akamalirizo zijja kubaawo ku Lwomukaaga." }, { "english": "Everyone in my family loves this show.", "luganda": "Buli omu awaka anyumirwa nnyo programu ye." }, { "english": "The final act left everyone in shock.", "luganda": "Omuzannyo ogwasembyeyo gwalese buli omu ali mu ntiisa." }, { "english": "That band has many fans.", "luganda": "Bbandi eyo erina abawagizi bangi." }, { "english": "There were many performances at the school concert.", "luganda": "Waabaddewo bingi ebyalagiddwa ku mukolo ogwabadde ku ssomero." }, { "english": "The performance began with my favorite song.", "luganda": "Omukolo gwatandise n'oluyimba lwe nsinga okwagala." }, { "english": "Those are his brothers.", "luganda": "Abo baganda be." }, { "english": "The secretary is in the office.", "luganda": "Omuwandiisi ali mu ofiisi." }, { "english": "I am finding it hard to understand what you are explaining.", "luganda": "Kinzibuwalidde okutegeera by'onnyonnyola." }, { "english": "Have you tried talking to your father?", "luganda": "Ogezezzaako okwogera ne taata wo." }, { "english": "We have completed the registration process of our company.", "luganda": "Tumaze okuwandiisa kampuni yaffe." }, { "english": "The organization is celebrating thirty years of existence.", "luganda": "Ekibiina kijaguza emyaka asatu bukya kitandikibwawo." }, { "english": "He won a gold medal at the swimming competitions.", "luganda": "Yawangudde omudaali ogwa zaabu mu mpaka z'okuwuga." }, { "english": "The dog has been barking since morning.", "luganda": "Embwa ebadde eboggola okuva ku makya." }, { "english": "His parents migrated to Uganda when he was three years old.", "luganda": "Bazadde be baasengukira mu Uganda nga wa myaka esatu." }, { "english": "My younger sister has been admitted to the school that she wanted.", "luganda": "Muganda wange omuto baamuwadde ekifo mu ssomero ly'abadde ayagala." }, { "english": "Have you dug the holes where we shall plant the trees?", "luganda": "Musimye ebinnya mwe tugenda okusimba emiti?" }, { "english": "The company is yet to hire a new director.", "luganda": "Kampuni tennaba kufuna dayirekita mupya." }, { "english": "He runs ten kilometers every morning.", "luganda": "Adduka kiromita kkumi buli kumakya." }, { "english": "She has taken the bicycle to the mechanic.", "luganda": "Atutte eggaali ewa makanika." }, { "english": "Let's meet tomorrow at church.", "luganda": "Tusisinkane enkya ku kanisa." }, { "english": "How much did this watch cost you?", "luganda": "Essaawa eno wagigula mmeka?" }, { "english": "That is the player who scored the first goal.", "luganda": "Oyo ye musambi eyateebye ggoolo eyasoose." }, { "english": "How many years have you spent at this company?", "luganda": "Omaze myaka emeka mu kampuni eno?" }, { "english": "This girl is always complaining about us to the teacher.", "luganda": "Omuwala ono buli kiseera aba atwemulugunyaako eri omusomesa." }, { "english": "She was riding the bicycle while I was running.", "luganda": "Yabadde avuga ggaali nga nze bwe nziruka." }, { "english": "The police said that it has arrested twenty people in connection with yesterday's theft.", "luganda": "Poliisi egambye nti ekutte abantu abiri abeekuusa ku bubbi obwabaddewo jjo." }, { "english": "This town is so clean.", "luganda": "Akabuga kano kayonjo nnyo." }, { "english": "His house was swept away by the floods.", "luganda": "Ennyumba ye amataba gaagyeze." }, { "english": "She plays football with her brothers.", "luganda": "Azannya ne baganda be omupiira." }, { "english": "He has built a house for his parents.", "luganda": "Yazimbira bazadde be ennyumba." }, { "english": "The rainy season has already started.", "luganda": "Ekiseera ky'enkuba kitandise." }, { "english": "Some animals in the national parks are endangered.", "luganda": "Ensolo ezimu mu kkuumiro ly'ebisolo ziri mu kabi." }, { "english": "We were given seven cows on our wedding day.", "luganda": "Twaweebwa ente musanvu ku lunaku lwaffe olw'embaga." }, { "english": "It is too dark I can't see anything.", "luganda": "Enzikiza ekutte nnyo sirina kye ndaba." }, { "english": "How many prisoners are in that cell?", "luganda": "Akaduukulu ako kalimu abasibe bameka?" }, { "english": "Do you know what you are talking about?", "luganda": "Ky'oyogerako okimanyi?" }, { "english": "The lady was deported back to America.", "luganda": "Omukazi baamuzzaayo mu Amerika." }, { "english": "He will be taken to court tomorrow.", "luganda": "Ajja kutwalibwa mu kkooti enkya." }, { "english": "The city authorities have approved the plan for our proposed building.", "luganda": "Abakulira ekibuga bakkirizza pulaani y'ekizimbe kyaffe." }, { "english": "Have you compiled the list that the teacher asked for?", "luganda": "Okoze olukalala omusomesa lwe yakugambye okukola?" }, { "english": "My laptop has stopped working.", "luganda": "Laputoopu yange erekedde awo okukola." }, { "english": "There are a lot of people in prison.", "luganda": "Ekkomera lirimu abantu bangi." }, { "english": "Close that window before it gets dark.", "luganda": "Ggalawo eddirisa eryo nga tebunnaziba." }, { "english": "Two people were charged with murdering the businessman from Kenya.", "luganda": "Abantu babiri be bavunaanibwa ogw'okutta omusuubuzi w'e Kenya." }, { "english": "He is having a belly ache.", "luganda": "Olubuto lumuluma." }, { "english": "Who is the police spokesperson?", "luganda": "Ani mwogezi wa poliisi?" }, { "english": "She was educating mothers on the importance of breastfeeding.", "luganda": "Yabadde asomesa bamaama obukulu bw'okuyonsa abaana." }, { "english": "The president announced that some prisoners will be forgiven.", "luganda": "Pulezidenti yagambye nti abasibe abamu bajja kusonyiyibwa." }, { "english": "He has a lot of friends around town.", "luganda": "Alina emikwano mingi mu kibuga." }, { "english": "Do you know where the headquarters for the national television are found?", "luganda": "Omanyi wa ekitebe ekikulu ekya ttivi y'eggwanga gye kisangibwa?" }, { "english": "He cooks food for the builders.", "luganda": "Afumbira abazimbi emmere." }, { "english": "I was in the army for thirty years.", "luganda": "Nnaweereza mu magye okumala emyaka asatu." }, { "english": "Is this man still alive?", "luganda": "Omusajja ono akyali mulamu?" }, { "english": "He had spent twenty years in prison.", "luganda": "Yali amaze emyaka abiri mu kkomera." }, { "english": "The mayor of this city has been assassinated.", "luganda": "Meeya w'ekibuga kino baamusse." }, { "english": "Which football team do you think will win this game?", "luganda": "Olowooza ttiimu ki egenda okuwangula omupiira guno?" }, { "english": "He was not allowed to move out of the country.", "luganda": "Yali takkirizibwa kuva mu ggwanga." }, { "english": "He has finally found himself a woman to marry.", "luganda": "Kyadaaki amaze n'afuna omukazi ow'okuwasa." }, { "english": "I am very confident that we are going to win this basketball game.", "luganda": "Ndi mukakafu nti tugenda kuwangula empaka zino ez'ensero." }, { "english": "We shall not be hiring new workers next year.", "luganda": "Omwaka ogujja tetujja kuyingiza bakozi bapya." }, { "english": "These men were fighting from the market.", "luganda": "Abasajja bano baabadde balwanira mu katale." }, { "english": "Who placed these logs of wood on the kitchen door?", "luganda": "Ani yatadde ebiti bino ku luggi lw'efumbiro?" }, { "english": "The nurse is back.", "luganda": "Omusawo akomyewo." }, { "english": "What do you want from me?", "luganda": "Onjagaza ki?" }, { "english": "All the company workers have gone for lunch.", "luganda": "Abakozi ba kampuni bonna bagenze kulya kyamisana." }, { "english": "Unfortunately his mother died in the accident.", "luganda": "Eky'ennaku maama we yafiiridde mu kabenje." }, { "english": "That is a blessing.", "luganda": "Ogwo mukisa." }, { "english": "He used to work as my assistant.", "luganda": "Ye yannyambangako." }, { "english": "What are the symptoms of that disease?", "luganda": "Obubonero bw'obulwadde obwo bwe buliwa?" }, { "english": "He is pretending to be concerned.", "luganda": "Yeefuula afaayo ennyo." }, { "english": "I don’t know what you are after.", "luganda": "Simanyi ky'oliko." }, { "english": "We have seen worse things this year.", "luganda": "Tulabye ebintu ebibi ennyo omwaka guno." }, { "english": "He was killed by a police officer.", "luganda": "Omupoliisi ye yamusse." }, { "english": "Do you support the idea of buying a fully furnished house?", "luganda": "Olowooza kya magezi okugula ennyumba ewedde ng'erimu buli kimu?" }, { "english": "Have you talked to the players?", "luganda": "Oyogeddeko n'abazannyi?" }, { "english": "We should make one line.", "luganda": "Tusaanidde okusimba olunyiriri lumu." }, { "english": "She doesn’t know how to swim.", "luganda": "Tamanyi kuwuga." }, { "english": "Have you been to Germany?", "luganda": "Watuukako e Bugirimaani?" }, { "english": "There is always a lot of noise on the football pitch.", "luganda": "Mu kisaawe ky'omupiira mubaamu okuleekaana kungi." }, { "english": "We are going to miss you very much.", "luganda": "Tugenda kukusubwa nnyo." }, { "english": "How did the meal taste?", "luganda": "Emmere yawoomye?" }, { "english": "What is there tomorrow evening?", "luganda": "Kiki ekiriyo enkya akawungeezi?" }, { "english": "Did you see any supporters at the pitch?", "luganda": "Walabyeyo omuwagizi yenna ku kisaawe?" }, { "english": "Let us go and spray the tomatoes with pesticides.", "luganda": "Ka tugende tufuuyire ennyaanya eddagala." }, { "english": "Why did you leave this stool outside?", "luganda": "Lwaki akatebe kano wakalese wabweru?" }, { "english": "Why do you spit everywhere?", "luganda": "Lwaki owandula buli wamu?" }, { "english": "Your mother said that you shouldn’t leave home at night.", "luganda": "Maama wo yagambye nti tolina kuva waka kiro." }, { "english": "Football fans have been forced to enjoy the games from their homes.", "luganda": "Abawagizi b'omupiira babawalirizza okulabira omupiira awaka." }, { "english": "We shall support you on whatever decision that you make.", "luganda": "Tujja kukuwagira mu buli kimu ky'osalawo." }, { "english": "She said that she wanted to be alone.", "luganda": "Yagambye nti ayagala kuba yekka." }, { "english": "Has the class started?", "luganda": "Omusomesa atandise okusomesa?" }, { "english": "I found her walking with her husband in the morning.", "luganda": "Nnamusanze atambula n'omwami we ku makya." }, { "english": "His father used to work with us.", "luganda": "Taata we yakolanga naffe." }, { "english": "The president wants to win the support of the people once again.", "luganda": "Pulezidenti ayagala kuddamu kuganja mu bantu." }, { "english": "The company director has resigned.", "luganda": "Dayirekita wa kampuni alekulidde." }, { "english": "We were asked to go back to court on Monday.", "luganda": "Twalagiddwa okuddayo mu kkooti ku Bbalaza." }, { "english": "The car was parked in front of the gate.", "luganda": "Emmotoka yasimbiddwa mu maaso ga ggeeti." }, { "english": "This movie is interesting.", "luganda": "Firimu eno enyuma." }, { "english": "I want to buy a horse.", "luganda": "Njagala kugula mbalaasi." }, { "english": "How many goats do you have?", "luganda": "Olina embuzi mmeka?" }, { "english": "He has misused his office several times.", "luganda": "Akozesezza bubi ofiisi ye emirundi mingi." }, { "english": "I didn’t lay my bed in the morning.", "luganda": "Saayaze buliri bwange ku makya." }, { "english": "There are many forms of corruption.", "luganda": "Waliwo obulyi bw'enguzi bwa bika bingi." }, { "english": "Close that door and sit down.", "luganda": "Ggalawo oluggi olwo otuule." }, { "english": "Do you have time for your family?", "luganda": "Olina obudde bw'ab'omu maka go?" }, { "english": "He has joined the police force.", "luganda": "Yayingira poliisi." }, { "english": "What happened to your arm?", "luganda": "Omukono gwo gwaba ki?" }, { "english": "The presidential convoy stopped at this trading center.", "luganda": "Oluseregende lw'emmotoka za pulezidenti lwayimiriddeko mu kabuga kano." }, { "english": "Do you eat fish?", "luganda": "Olya ebyennyanja?" }, { "english": "For how long have you been with those shoes?", "luganda": "Omaze bbanga ki n'engato ezo?" }, { "english": "His father deals in second hand items.", "luganda": "Taata we atunda mivumba." }, { "english": "Did you ask the teacher about the school fees?", "luganda": "Wabuuzizza omusomesa ku bisale by'essomero?" }, { "english": "He works at the railway station.", "luganda": "Akola ku sitenseni y'eggaali y'omukka." }, { "english": "Someone has dropped their money.", "luganda": "Waliwo asudde ssente ze." }, { "english": "What do you want from this bag?", "luganda": "Kiki ky'oyagala mu nsawo eno?" }, { "english": "I want to dance with you.", "luganda": "Njagala kuzina naawe." }, { "english": "We had rice and fish for supper.", "luganda": "Eky'eggulo twalidde muceere na byennyanja." }, { "english": "What do you mean?", "luganda": "Otegeeza ki?" }, { "english": "The president is sick.", "luganda": "Pulezidenti mulwadde." }, { "english": "The bridge was swept away by the floods.", "luganda": "Amataba gaatutte olutindo." }, { "english": "There are few health centers in Northern Uganda.", "luganda": "Mu Bukiikakkono bwa Uganda eriyo amalwaliro matono." }, { "english": "The office has been closed for three days.", "luganda": "Ofiisi emaze ennaku ssatu nga nzigale." }, { "english": "Technology has changed very fast these days.", "luganda": "Tekinologiya akyuse nnyo ennaku zino." }, { "english": "Why don’t you report him to the police?", "luganda": "Lwaki tomuwawaabira ku poliisi?" }, { "english": "He wants to become a journalist.", "luganda": "Ayagala kuba munnamawulire." }, { "english": "Which medicine do you usually take when you have cramps?", "luganda": "Ddagala ki ly'omira ng'ebinywa bikuluma?" }, { "english": "He has was released from prison last evening.", "luganda": "Baamusumuludde okuva mu kkomero akawungeezi ka jjo." }, { "english": "Where did he study from?", "luganda": "Yasomera wa?" }, { "english": "That is the man that I was telling you about.", "luganda": "Musajja ki gwe mbadde nkubuulirako." }, { "english": "She likes playing computer games.", "luganda": "Ayagala nnyo okuzannya emizannyo gya kompyuta." }, { "english": "Who is your group leader?", "luganda": "Ani akulira ekibinja kyammwe?" }, { "english": "Has your father returned from Kenya?", "luganda": "Taata wo yakomawo okuva e Kenya?" }, { "english": "What point are you trying to make?", "luganda": "Kiki ky'ogezaako okutegeeza?" }, { "english": "Under what names did you register your sim card?", "luganda": "Kaadi yo ey'essimu wagiwandiisa mu mannya ki?" }, { "english": "Her father bought for her a new book.", "luganda": "Taata we yamugulidde ekitabo ekipya." }, { "english": "There might be a hole in the shoe.", "luganda": "Engato eyinza okuba ng'erimu ekituli." }, { "english": "The Members of Parliament visited the place where the child was killed from.", "luganda": "Ababaka ba palamenti baalambudde ekifo we battidde omwana." }, { "english": "What is the biggest national park in Uganda?", "luganda": "Kkuumiro ki ery'ebisolo erisinga obunene mu Uganda?" }, { "english": "Remind me about the meeting later in the day.", "luganda": "Nzijukiza olukungaana eddako." }, { "english": "What do you have to say about this land matter?", "luganda": "Kiki ky'oyogera ku nsonga y'ettaka eno?" }, { "english": "The tourists failed to climb that hill.", "luganda": "Abalambuzi baalemereddwa okwambuka akasozi ako." }, { "english": "The water prices have been hiked.", "luganda": "Ssente z'amazzi zirinnye." }, { "english": "His uncle brews local beer.", "luganda": "Kojja we asogola mwenge." }, { "english": "What provisions of the law are you relying on?", "luganda": "Kawaayiro ki mu ssemateeka ke weesigamyeko?" }, { "english": "He said a lot of things.", "luganda": "Yayogedde ebintu bingi." }, { "english": "She doesn’t trust her husband.", "luganda": "Teyeesiga mwami we." }, { "english": "The ballot papers were printed from Dubai.", "luganda": "Obukonge bw'obululu bwakubibwa Dubai." }, { "english": "Why should I trust you?", "luganda": "Nsinziira ku ki okukwesiga?" }, { "english": "Did you read the report from the office of the president?", "luganda": "Wasomye alipoota okuva mu ofiisi ya pulezidenti?" }, { "english": "They welcomed me very well to their house.", "luganda": "Bannyanirizza bulungi mu nnyumba yaabwe." }, { "english": "The students have started doing their examinations.", "luganda": "Abayizi batandise okukola ebibuuzo byabwe." }, { "english": "Did you keep any food for me?", "luganda": "Mwanterekeddeyo ku mmere?" }, { "english": "I don’t want to listen to your excuses.", "luganda": "Saagala kuwulira byekwaso byo." }, { "english": "Your wife needs financial support at this time.", "luganda": "Mukyala wo yeetaaga okumuwagira mu by'ensimbi mu kiseera kino." }, { "english": "This picture is so nice.", "luganda": "Ekifaananyi kino kirungi nnyo." }, { "english": "This cloth is of high quality.", "luganda": "Olugoye luno omutindo gwalwo mulungi nnyo." }, { "english": "The government has purchased five ambulances.", "luganda": "Gavumenti eguze ambyulensi ttaano." }, { "english": "Where can one invest their money without fear of making losses?", "luganda": "Kintu ki omuntu ky'ayinza okussaamu ssente nga tatya kufiirwa ssente?" }, { "english": "The leaders are having a meeting about the prices of electricity.", "luganda": "Abakulembeze bafunye olukungaana okwogera ku bbeeyi y'amasannyalaze." }, { "english": "You should start saving some money for your future.", "luganda": "Osaanidde okutandika okuterekawo ssente ezinaakuyamba mu biseera eby'omu maaso." }, { "english": "The tap is no longer leaks.", "luganda": "Taapu tekyatonnya." }, { "english": "What are you thinking about?", "luganda": "Olowooza ku ki?" }, { "english": "He has been supplying this company with paper for the last sixty years.", "luganda": "Okumala emyaka mukaaga y'abadde awa kampuni eno empapula." }, { "english": "What requirements has your school asked for this time?", "luganda": "Biki bye bakwetaagisa ku ssomero lyo ku luno?" }, { "english": "Have you paid your water bills?", "luganda": "Wasasula ebisale byo eby'amazzi?" }, { "english": "We have been encouraged to buy local products.", "luganda": "Tukubiriziddwa okugula ebintu ebikolebwa kuno." }, { "english": "There is a certain company that can do this job.", "luganda": "Waliwo kampuni esobola okukola omulimu guno." }, { "english": "Where did you leave my mother?", "luganda": "Maama wange wamulese wa?" }, { "english": "That man was arrested for stealing a chicken.", "luganda": "Omusajja oyo bamukutte lwa kubba nkoko." }, { "english": "Don’t lean on that glass table.", "luganda": "Teweesigama ku mmeeza eyo ey'endabirwamu." }, { "english": "The maximum number of people allowed to move in a private car is three.", "luganda": "Abantu basatu bokka be bakkirizibwa okutambulira mu mmotoka ez'obwa nnanyini." }, { "english": "Prisoners equally have rights that must be respected.", "luganda": "Abasibe nabo balina eddembe lyabwe eririna okussibwamu ekitiibwa." }, { "english": "She was given a new car as a birthday gift.", "luganda": "Baamuwadde ekirabo kya mmotoka kapyata ku mazaalibwa ge." }, { "english": "He is standing outside the car.", "luganda": "Ayimiridde wabweru wa mmotoka." }, { "english": "How do they handle patients at that hospital?", "luganda": "Abalwadde babayisa batya mu ddwaliro eryo?" }, { "english": "The teachers are going to punish us for going late to class.", "luganda": "Abasomesa bagenda kutubonereza olw'okugenda ekikeerezi mu kibiina." }, { "english": "What are the rules governing this place?", "luganda": "Mateeka ki agafuga ekifo kino?" }, { "english": "The company was training its workers on how to put out a fire.", "luganda": "Kampuni yabadde etendeka bakozi baayo ku ngeri y'okuzikiza omuliro." }, { "english": "We are expected to report to school in seven days.", "luganda": "Tusuubirwa okugenda ku ssomero mu nnaku musanvu okuva kati." }, { "english": "He spent a lot of money on that bag.", "luganda": "Yamalidde ssente nnyingi ku nsawo eyo." }, { "english": "We spent six days at the hotel.", "luganda": "Twamala ennaku mukaaga ku wooteeri." }, { "english": "She has a broken arm.", "luganda": "Omukono gwe gwamenyeka." }, { "english": "The car has stopped.", "luganda": "Emmotoka ezikidde." }, { "english": "The prisoners are not allowed to interact with anyone.", "luganda": "Abasibe tebakkirizibwa kwogera na muntu yenna." }, { "english": "We are monitoring the situation at the hospital.", "luganda": "Tukyetegereza embeera ku ddwaliro." }, { "english": "What have you done since morning?", "luganda": "Okoze ki okuva ku makya ?" }, { "english": "They said that her conduct was bad.", "luganda": "Baagambye nti yeeyisa bubi." }, { "english": "Do you know how important it is to play with your children?", "luganda": "Omanyi lwaki kikulu okuzannya n'abaana bo?" }, { "english": "I visited my sister yesterday.", "luganda": "Nnakyaliddeko muganda wange jjo." }, { "english": "There is someone knocking at the door.", "luganda": "Waliwo akonkona ku luggi." }, { "english": "One hundred prisoners escaped from prison last year.", "luganda": "Abasibe kikumi baatoloka mu kkomera omwaka oguwedde." }, { "english": "You have a right to own property.", "luganda": "Olina eddembe okuba n'obwannanyini ku bintu byo." }, { "english": "She will be representing the government at the conference.", "luganda": "Ajja kukiikirira gavumenti mu lukungaana." }, { "english": "The police arrested several people last night.", "luganda": "Poliisi yakutte abantu abawerako jjo ekiro." }, { "english": "She said that she was tortured by the police.", "luganda": "Yagambye nti poliisi yamutulugunyizza." }, { "english": "When did you write that letter?", "luganda": "Ebbaluwa eyo wagiwandiise ddi?" }, { "english": "His uncle is a minister.", "luganda": "Kojja we minisita." }, { "english": "He promised to come back early.", "luganda": "Yasuubizza okukomawo nga bukyali." }, { "english": "We shall pay your money.", "luganda": "Tujja kukusasula ssente zo." }, { "english": "The police can arrest you at any time.", "luganda": "Poliisi esobola okukukwata ekiseera kyonna." }, { "english": "Why do you threaten people?", "luganda": "Lwaki mutiisatiisa abantu?" }, { "english": "That man chased his wife from their house.", "luganda": "Omusajja oyo yagobye mukazi we mu nnyumba yaabwe." }, { "english": "The government pays her school fees.", "luganda": "Gavumenti emusasulira ebisale by'essomero." }, { "english": "Thank you for helping us to push the car.", "luganda": "Weebale kutuyamba kusindika mmotoka." }, { "english": "That is the woman who owns that shop.", "luganda": "Omukazi oyo ye nnanyini dduuka eryo." }, { "english": "He reported the matter to the police.", "luganda": "Ensonga yagitegeeza poliisi." }, { "english": "He concentrates better in a quiet environment.", "luganda": "Assaayo nnyo omwoyo ng'ali mu kifo ekisirifu." }, { "english": "He missed out a lot during the meeting because he was dozing.", "luganda": "Bingi nnyo ebyamuyitako mu lukungaana kubanga yali asumagira." }, { "english": "Some teachers do not even have smartphones to conduct online classes.", "luganda": "Abasomesa abamu tebalina ssimu za simaati okusobola okusomesezza yintaneeti." }, { "english": "Online classes are a bit more convenient than physical classes.", "luganda": "Okusomera ku yintaneeti kwanguwa okusinga okusomera mu kibiina." }, { "english": "Leaders have a right to exercise their authority where necessary.", "luganda": "Abakulembeze balina eddembe okukozesa obuyinza bwabwe we kyetaagisa." }, { "english": "The official date for reopening schools has not yet been communicated.", "luganda": "Olunaku lw'omwezi lwennyini olw'okuggulirawo amasomero terunnaba kututegeezebwa." }, { "english": "While at school students get a chance to interact with each other.", "luganda": "Bwe babeera ku ssomero abayizi bafuna akakisa okwogerezeganya ne bannaabwe." }, { "english": "What tools are required to create an online class?", "luganda": "Bintu ki ebyetaagisa okusobola okussaawo okusoma okw'oku yintaneeti?" }, { "english": "Ripe fruits are sweet.", "luganda": "Ebibala ebyengedde biwoma." }, { "english": "How has the pandemic affected the education system in Uganda?", "luganda": "Ekirwadde kikosezza kitya eby'enjigiriza mu Uganda?" }, { "english": "What skills were required for the job?", "luganda": "Omulimu ogwo gwali gwetaagisa bukugu ki?" }, { "english": "Some schools do not have enough resources to start online classes.", "luganda": "Amasomero agamu tegalina byetaago bimala okusobola okutandikawo okusoma okw'oku yintaneeti." }, { "english": "We need to adapt to the technological changes in the world today.", "luganda": "Tulina okutuukana n'enkyukakyuka mu tekinologiya ali mu nsi leero." }, { "english": "The author of the book said that it was based on a true story.", "luganda": "Omuwandiisi w'ekitabo ekyo yagamba nti kyesigamizibwa ku kintu ekyaliwo ddala." }, { "english": "Some parents are worried about the future of their children.", "luganda": "Abazadde abamu beeraliikira ebikwata ku biseera by'abaana baabwe eby'omu maaso." }, { "english": "Some people believe that learning never ends.", "luganda": "Abantu abamu bakikkiriza nti okuyiga tekukoma." }, { "english": "Parents should provide proper guidance to their children while growing up.", "luganda": "Abazadde balina okuwa abaana baabwe obulagirizi obusaanidde nga bakula." }, { "english": "How many guests were invited to attend the party?", "luganda": "Abagenyi bameka abaayitibwa ku kabaga?" }, { "english": "Some parents fear to counsel their children.", "luganda": "Abazadde abamu batya okubuulirira abaana baabwe." }, { "english": "The public needs to be sensitized about the benefits of family planning.", "luganda": "Abantu balina okusomesebwa ebikwata ku miganyulo egiri mu nkola ey'ekizaalaggumba." }, { "english": "What is the reason behind keeping social distance during this pandemic?", "luganda": "Lwaki kyetaagisa okwewa amabanga mu kiseera kino eky'ekirwadde?" }, { "english": "The drunkard man does not care about his children.", "luganda": "Omusajja omutamiivu tafaayo ku baana be." }, { "english": "As a parent what is the benefit of creating time for your children?", "luganda": "Ng'omuzadde miganyulo ki egiri mu kufiisizzaawo abaana bo akadde?" }, { "english": "The president warned police officials against torturing prisoners.", "luganda": "Pulezidenti yalabula abakungu ba poliisi ku bikwata ku kutulugunya abasibe." }, { "english": "Some television programs are not suitable for children.", "luganda": "Pulogulaamu ezimu ez'oku ttivi si nnungi eri abaana." }, { "english": "What are some of the activities that can help the body keep fit?", "luganda": "Bintu ki ebimu ebiyinza okukolebwa okuyamba omubiri okuba obulungi?" }, { "english": "I back up all my phone contacts on my google account.", "luganda": "Ennamba z'amassimu eziri ku ssimu yange nzitereka ku mukutu gwange ogwa yintaneenti." }, { "english": "What are some of the challenges being faced by children during this pandemic?", "luganda": "Okumu ku kusoomooza abaana kwe boolekaganye nakwo mu kiseera kino eky'ekirwadde kwe kuliwa?" }, { "english": "The children read storybooks in their free time.", "luganda": "Abaana basoma ebitabo ebirimu engero mu biseera byabwe eby'eddembe." }, { "english": "Some children have developed bad behaviors as a result of idleness.", "luganda": "Abaana abamu bayize empisa embi olw'okubeera awo nga tebalina bya kukola." }, { "english": "I did not have any internet bundles to be online.", "luganda": "Ssabadde na bbando za yintaneenti okusobola okubeera ku mukutu." }, { "english": "Our school has both the primary and secondary sections.", "luganda": "Essomero lyaffe liriko essomero lya pulayimale ne siniya." }, { "english": "Besides coronavirus there are other diseases in the community.", "luganda": "Ng'oggyeko ekirwadde kya korona mu kitundu mulimu n'enddwadde endala." }, { "english": "Kneeling down to pray is part of her daily routine.", "luganda": "Okufukamira okusaba kye kimu ku bintu by'akola buli lunaku." }, { "english": "It is very hard to get things for free these days.", "luganda": "Kizibu nnyo ennaku zino okufuna ebintu eby'obwereere." }, { "english": "The Ministry of Education introduced a new curriculum for secondary school learners in two thousand twenty.", "luganda": "Mu nkumi bbiri mu abiri ekitongole ky'eby'enjigiriza kyafulumya enteekateeka y'okusoma empya enneegobererwa abayizi ba siniya." }, { "english": "I do not think that radio-based learning is effective enough.", "luganda": "Ssirowooza nti okusoma okw'oku leediyo kulungi ekimala." }, { "english": "At least every homestead in Uganda has a radio.", "luganda": "Waakiri buli maka mu Uganda galina leediyo." }, { "english": "Several schools have tried to adopt the online form of learning.", "luganda": "Amasomero mangi gagezezaako okugoberera enkola ey'okusomera ku yintaneeti." }, { "english": "Some students are planning not to go back to school.", "luganda": "Abayizi abamu bateekateeka obutaddayo ku ssomero." }, { "english": "Can one self-test for coronavirus from home?", "luganda": "Omuntu asobola okwekebera ekirwadde kya korona awaka?" }, { "english": "Government procures medical equipment on behalf of its hospitals.", "luganda": "Gavumenti egulira amalwaliro gaayo ebintu eby'okukozesa mu kujjanjaba." }, { "english": "The former quarantine centers are no longer in place.", "luganda": "Ebifo gye baakuumiranga abantu be baateeka mu kalantiini tebikyaliwo." }, { "english": "Doctors used artificial oxygen to treat some coronavirus patients.", "luganda": "Abasawo baakozesanga omukka gwa okisijeeni omukolerere okujjanjaba abalwadde abamu ab'ekirwadde kya korona." }, { "english": "The coronavirus health workers in the Eastern region are limited by several challenges including lack of ambulance.", "luganda": "Abasawo b'ekirwadde kya korona mu kitundu eky'Ebuvanjuba balina ebintu bingi ebibasoomooza nga mw'otwalidde n'obutaba na ambyulensi." }, { "english": "Transportation is difficult in mountainous areas.", "luganda": "Eby'entambula bizibu nnyo mu bitundu eby'ensozi." }, { "english": "He tried to make jokes so as to make her happy.", "luganda": "Yagezaako okusaagirira asobole okumusanyusa." }, { "english": "Different Members of Parliament donated ambulances to the community during the lockdown.", "luganda": "Ababaka ba palamenti abatali bamu baawaayo ambyulensi eri ebitundu mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "When was the last population census carried out in Uganda?", "luganda": "Okubala abantu okwesembayo okukolebwa mu Uganda kwaliwo ddi?" }, { "english": "Karamoja region is sparsely populated.", "luganda": "Ekitundu kya Karamoja tekiriimu bantu bangi." }, { "english": "The third wave of coronavirus may arise in the country if precautionary measures are not taken.", "luganda": "Omuyaga ogw'okusatu ogw'ekirwadde kya korona guyinza okujja mu ggwanga singa abantu tebeefiirayo kugoberera bulagirizi." }, { "english": "Is it possible to completely eradicate coronavirus in the world?", "luganda": "Kisoboka okumalirawo ddala ekirwadde kya korona mu nsi yonna?" }, { "english": "Delayed salaries demotivate workers.", "luganda": "Omusaala bwe gulwawo kimalamu abakozi amaanyi." }, { "english": "The cross-border restrictions were uplifted by the president in his last press conference.", "luganda": "Ebiragiro ebigaana abantu okusala ensalo byaggyibwawo pulezidenti mu kwogera kwe okwasembayo." }, { "english": "More health facilities need to be constructed in the country.", "luganda": "Amalwaliro amalala galina okuzimbibwa mu ggwanga." }, { "english": "Health workers have worked hard to save people's lives during the pandemic.", "luganda": "Abasawo bakoze nnyo okutaasa obulamu bw'abantu mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "He has no permanent address.", "luganda": "Talina w'abeera wa nkalakalira." }, { "english": "In some hospitals beds were not enough to accommodate the number of coronavirus patients.", "luganda": "Mu malwaliro agamu ebitanda byali tebimala okukozesebwa abalwadde abangi ab'ekirwadde kya korona." }, { "english": "He hired a professional photographer to take his wedding pictures.", "luganda": "Yapangisa omukubi w'ebifaananyi omukugu okukuba ebifaananyi by'embaga ye." }, { "english": "What is the purpose of quarantining non coronavirus patients?", "luganda": "Kigendererwa ki ekiri mu kuteeka mu kalantiini abantu abatali balwadde b'ekirwadde kya korona?" }, { "english": "The cost of medication cause people to fear going to the hospital when they are ill.", "luganda": "Essente ezirina okusasulirwa obujjanjabi zireetera abantu okutya okugenda mu ddwaliro nga balwadde." }, { "english": "Her grandmother is mentally ill.", "luganda": "Jjajja we omukazi mulwadde wa bwongo." }, { "english": "The most common symptoms of coronavirus are similar to those of influenza.", "luganda": "Obubonero bw'ekirwadde kya korona obusinga bufaanagana n'obwa ssenyiga." }, { "english": "How much funds were allocated to the health sector this financial year?", "luganda": "Ssente mmeka ezaaweebwa ekitongole ky'eby'obulamu mu mwaka guno ogw'eby'ensimbi?" }, { "english": "The suspects were arrested without any evidence.", "luganda": "Abateeberezebwa baakwatibwa awatali kizibiti kyonna." }, { "english": "Patients with coronavirus were urgently attended to in the hospitals.", "luganda": "Abalwadde b'ekirwadde kya korona baakolebwako mangu mu ddwaliro." }, { "english": "Medical officers highly discourage self-medication.", "luganda": "Abasawo tebakkiriziganya na kya kwejjanjaba wekka." }, { "english": "Previously schools were used as quarantine centers.", "luganda": "Gyebuvuddeko amasomero gaali gakozesebwa ng'ebifo eby'okukuumiramu abantu abali mu kalantiini." }, { "english": "Communities are aware of the prevalence of coronavirus disease in the country.", "luganda": "Abantu bakimanyi nti waliwo ekirwadde kya korona mu ggwanga." }, { "english": "He called his wife and informed her that he will be coming home late.", "luganda": "Yakubira mukazi we essimu n'amutegeeza nti ajja kudda kikeerezi." }, { "english": "In most cases communication strengthens relationships.", "luganda": "Mu mbeera ezisinga obungi empuliziganya ennyweza enkolagana." }, { "english": "The job requires her to move from one place to another.", "luganda": "Omulimu gumwetaagisa okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala." }, { "english": "I told him to put his trust in God.", "luganda": "Nnamugamba okussa obwesige bwe mu Katonda." }, { "english": "Muslims celebrate two Eids in a year.", "luganda": "Abasiraamu baba ne Eid za mirundi ebiri omwaka." }, { "english": "God has the best plan for my life.", "luganda": "Katonda alina enteekateeka esingayo obulungi eri obulamu bwange." }, { "english": "We ate supper at six o'clock in the evening.", "luganda": "Ekyeggulo twakirya ku ssaawa kumi na bbiri ez'akawungeezi." }, { "english": "Living things can die.", "luganda": "Ebintu ebiramu bisobola okufa." }, { "english": "The news about the president's illness was fake news.", "luganda": "Amawulire agakwata ku bulwadde bwa pulezidente gaali ga bulimba." }, { "english": "Let me charge my phone since it has a low battery.", "luganda": "Ka nkyaginge essimu yange kubanga bbatule eweddeko omuliro." }, { "english": "Some television stations have closed their operation in Uganda.", "luganda": "Ttivi ezimu ziggaddewo emirimu gyaazo mu Uganda." }, { "english": "It is not illegal for a civilian to own a gun in Uganda.", "luganda": "Tekimenya mateeka omuntu owa bulijjo okuba n'emmundu mu Uganda." }, { "english": "He rides a rare motorcycle brand.", "luganda": "Avuga ekika kya pikipiki ekitali kya bulijjo." }, { "english": "The police spokesperson urged the public to respect the presidential directives.", "luganda": "Omwogezi wa poliisi yakubiriza abantu okussa ekitiibwa mu biragiro bya pulezidenti." }, { "english": "As she panicked the plate slid from her hands and fell down.", "luganda": "Bwe yali ng'akankana esowaani yaseerera n'emuva mu ngalo n'eggwa wansi." }, { "english": "He parked the car beside the road because he was not feeling well.", "luganda": "Emmotoka yagisimba mabbali g'ekkubo kubanga yali tawulira bulungi." }, { "english": "The police report on the current murders is unsatisfactory.", "luganda": "Alipoota ya poliisi ku ttemu eririwo tematiza." }, { "english": "What are the benefits of carrying out criminal investigations?", "luganda": "Miganyulo ki egiri mu kunoonyereza ku buzzi bw'emisango?" }, { "english": "She desperately wants to get married this year.", "luganda": "Ayagala nnyo okufumbirwa omwaka guno." }, { "english": "There is an increase in the number of murder cases in the country.", "luganda": "Ettemu ligenze lyeyongerayongera mu ggwanga." }, { "english": "What are the structures of government?", "luganda": "Ebitongole bya gavumenti bye biruwa?" }, { "english": "Why do children go to school?", "luganda": "Lwaki abaana bagenda ku ssomero?" }, { "english": "The old man feels lonely ever since his wife died.", "luganda": "Omusajja omukadde awulira ekiwuubaalo bukya mukyala we afa." }, { "english": "Her family is the richest in the village.", "luganda": "Amaka gaabwe ge gasingayo obugagga mu kyalo." }, { "english": "Life is what you make it to be.", "luganda": "Obulamu buba ekyo ky'oyagala bube." }, { "english": "Most of the shelves in her shop were empty.", "luganda": "Amassa agasinga obungi mu dduuka lye gaali makalu." }, { "english": "Our last born at home is fifteen years old.", "luganda": "Asembayo obuto ewaffe wa myaka kumi n'ettaano egy'obukulu." }, { "english": "It is very painful to lose a loved one.", "luganda": "Kiruma nnyo okufiirwa omwagalwa wo." }, { "english": "The religion of Islam allows men to marry more than one wife.", "luganda": "Eddiini y'Ekisiraamu ekkiriza abasajja okuwasa abakazi abasukka mu omu." }, { "english": "We need to let go of the past in order to move on.", "luganda": "Tulina okuva ku byayita okusobola okugenda mu maaso." }, { "english": "Death is a mystery how true is this statement?", "luganda": "Okufa tekutegeerekeka ebigambo bino bituufu kwenkana wa?" }, { "english": "Is it true that the police sometimes arrest the wrong suspects?", "luganda": "Ddala kituufu nti oluusi poliisi ekwata abantu abateeberezebwa abakyamu?" }, { "english": "Arresting criminals has not put an end to crime in society.", "luganda": "Okukwata abazzi b'emisango tekimazzeewo buzzi bwa misango mu kitundu." }, { "english": "He killed himself because he had lost all hope.", "luganda": "Yetta kubanga yali awaddemu esuubi." }, { "english": "What are some of the challenges faced by the Uganda police?", "luganda": "Okumu ku kusoomooza poliisi ya Uganda kw'eyolekaganye nakwo kwe kuliwa?" }, { "english": "There are ongoing manslaughters in the Southwestern part of Kampala.", "luganda": "Waliwo okutta abantu okugenda mu maaso mu bitundu eby'e Bukiikaddyo bw'ebugwanjuba bwa Kampala." }, { "english": "Who is behind the assassination of government officials in Uganda?", "luganda": "Ani ali emmabega w'okutta abakungu ba gavumenti mu Uganda?" }, { "english": "Killing others is a sin before God.", "luganda": "Okutta abantu abalala kibi mu maaso ga Katonda." }, { "english": "When we are young we are curious about so many things.", "luganda": "Bwe tuba abato tuba twagala okumanya ebintu bingi nnyo." }, { "english": "Why are people so heartless in this world?", "luganda": "Lwaki abantu tebalina kisa mu nsi eno?" }, { "english": "The deceased was my friend's father.", "luganda": "Omugenzi yali mukwano gwa kitange." }, { "english": "Security officials are usually armed while executing most of their duties.", "luganda": "Ab'eby'eby'okwerinda batera okuba n'eby'okulwanyisa nga bakola emirimu gyabwe egisinga obungi." }, { "english": "The government is helping to restore peace in the Democratic Republic of Congo.", "luganda": "Gavumenti eyambako okuzzaawo emirembe mu Democratic Republic of Congo." }, { "english": "Why is it necessary to carry out investigations?", "luganda": "Lwaki kisaana okukola okunoonyereza?" }, { "english": "The jerrycan was leaking.", "luganda": "Ekidomola kyali kitonnya." }, { "english": "She did not give a speech at her daughter's wedding ceremony.", "luganda": "Teyayogera ku mukolo gw'embaga ya muwala we." }, { "english": "Naturally people are not the same.", "luganda": "Mu butonde abantu si be bamu." }, { "english": "Some electric poles fell as a result of the heavy rain.", "luganda": "Ebikondo by'amasanyalaze ebimu byagwa olw'enkuba ey'amaanyi eyatonnya." }, { "english": "His car consumes petrol fuel.", "luganda": "Emmotoka ye ennywa amafuta ga petulooli." }, { "english": "He decided to end his relationship with her.", "luganda": "Yasalawo okukomya enkolagana ye naye." }, { "english": "A fingerprint can be used instead of a signature.", "luganda": "Ekinkumu kisobola okukozesebwa mu kifo ky'omukono." }, { "english": "There were five interviewers on the panel.", "luganda": "Abaali babuuza ebibuuzo baali bataano." }, { "english": "When does the parliament sit?", "luganda": "Palamenti ettuula ddi?" }, { "english": "God protects us day and night.", "luganda": "Katonda atukuuma emisana n'ekiro." }, { "english": "I last contacted him yesterday evening.", "luganda": "Nnasembyeyo okumutuukirira jjo akawungeezi." }, { "english": "The president addressed issues on security in the country.", "luganda": "Pulezidenti yayogera ku nsonga z'eby'okwerinda mu ggwanga." }, { "english": "The police killed some of the suspected assassins.", "luganda": "Poliisi yatta abamu ku abo abaali bateeberezebwa okuba abatujju." }, { "english": "The police arrived late at the crime scene.", "luganda": "Poliisi yatuuka kikeereze mu kifo awaali wazziddwa omusango." }, { "english": "The Member of Parliament for our constituency changed his political party.", "luganda": "Omubaka wa palamenti ow'omu kitundu kyaffe yasala eddiiro n'adda mu kibiina ky'eby'obufuzi ekirala." }, { "english": "His property was taken because he failed to clear the loan balance.", "luganda": "Ebintu bye byatwalibwa kubanga yalemererwa okumalayo ebbanja lye yeewola." }, { "english": "Everyone is entitled to their own opinion.", "luganda": "Buli omu wa ddembe okuba n'endowooza ye." }, { "english": "His brother is better than him at dancing.", "luganda": "Muganda we azina bulungi okumusinga." }, { "english": "The ruling party has the most Members of Parliament.", "luganda": "Ekibiina ekiri mu buyinza kirina ababaka abasinga obungi mu palamenti." }, { "english": "The presidential elections took place on the fourteenth of January two thousand twenty one.", "luganda": "Okulonda pulezidenti kwaliwo nga kumi na nya mu mwezi ogw'olubereberye mu mwaka nkumi bbiri abiri mu gumu." }, { "english": "People go to courts of law with the hope of obtaining justice.", "luganda": "Abantu bagenda mu kkooti z'amateeka nga basuubira okufuna obwenkanya." }, { "english": "Do not kill others because everyone's life matters.", "luganda": "Totta balala kubanga obulamu bwa buli muntu bwa muwendo." }, { "english": "Why has the public lost trust in the police?", "luganda": "Lwaki abantu tebakyalina bwesige mu poliisi?" }, { "english": "Who is behind the assassinations in the country?", "luganda": "Ani ali emmabega w'okutta abantu mu ggwanga?" }, { "english": "He did not have enough evidence to win the case.", "luganda": "Teyalina bujulizi bumala okusobola okuwangula omusango." }, { "english": "What is required in an investigation?", "luganda": "Biki ebyetaagisa mu kunoonyereza?" }, { "english": "What should be done to restore peace and security in some parts of the country?", "luganda": "Kiki ekirina okukolebwa okuzzaawo emirembe n'obutebenkevu mu bitundu ebimu mu ggwanga?" }, { "english": "He could not move without support.", "luganda": "Yali tasobola kutambula nga tawaniriddwa." }, { "english": "In Uganda a suspect is innocent until proven guilty by the courts of law.", "luganda": "Mu Uganda omuntu ateeberezebwa taba na musango okutuusa nga kkooti zikikakasiza nti alina omusango." }, { "english": "She refused to pick my phone calls.", "luganda": "Yagaana okukwata amasimu gange." }, { "english": "What is the importance of masts?", "luganda": "Emirongooti girina mugaso ki?" }, { "english": "He switched his phone off before the meeting.", "luganda": "Essimu ye yagiggyako ng'olukungaana terunnatandika." }, { "english": "Some children do not know how their fathers look like.", "luganda": "Abaana abamu tebamanyi bakitaabwe bwe bafaanana." }, { "english": "How has coronavirus affected the agricultural activities in Uganda?", "luganda": "Ekirwadde kya korona kikoseza kitya eby'obulimi mu Uganda?" }, { "english": "Some farmers export their farm produce to countries like Kenya.", "luganda": "Abalimi abamu batwala ebirime byabwe mu nsi nga Kenya." }, { "english": "Animal waste can be used as manure in the garden.", "luganda": "Obusa bw'ebisolo busobola okukozesebwa ng'ebigimusa mu nnimiro." }, { "english": "What were some of the restrictions set by the government to reduce the spread of the pandemic?", "luganda": "Agamu ku mateeka agaassibwawo gavumenti okukendeeza ku kusaasaana kw'ekirwadde ge galuwa?" }, { "english": "Pesticides help us control the spread of pests in the garden.", "luganda": "Eddagala ly'okufuuyira ebiwuka lituyamba mu kutangira okusaasaana kw'ebiwuka mu nnimiro." }, { "english": "What is the purpose of farmers' cooperatives?", "luganda": "Ebibiina by'abalimu eby'obwegasi birina kiruubirirwa ki?" }, { "english": "How long do bean seeds take to grow?", "luganda": "Ensigo z'ebijjanjaalo zitwala bbanga ki okukula?" }, { "english": "The government gave out seeds to farmers.", "luganda": "Gavumenti yawa abalimi ensigo." }, { "english": "What tools are required for planting crops?", "luganda": "Biki ebyetaagisa okukozesebwa mu kusimba ebirime?" }, { "english": "How many districts are in Uganda?", "luganda": "Disitulikiti mmeka eziri mu Uganda?" }, { "english": "Farmers have profited from commercial farming.", "luganda": "Abalimi baganyuddwa mu kulima eby'okutunda." }, { "english": "The food prices were lower during the lockdown.", "luganda": "Emiwendo gy'emmere gyali wansi mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "The government came up with programs promoting agriculture in Uganda.", "luganda": "Gavumenti yavaayo n'enteekateeka z'okutumbula eby'obulimi n'obulunzi mu Uganda." }, { "english": "What kind of inputs do farmers need?", "luganda": "Byakukozesa ki abalimi bye beetaaga?" }, { "english": "What could have been some of the benefits of the lockdown?", "luganda": "Egimu ku miganyulo egiyinza okuba nga gyava mu muggalo gye kiruwa?" }, { "english": "Food was plenty and cheap during the lockdown.", "luganda": "Emmere yali mu bungi era nga n'emiwendo gya wansi mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "People are not pleased with the lockdown.", "luganda": "Abantu si basanyufu ku lw'omuggalo." }, { "english": "What should be done about the food surplus?", "luganda": "Kiki ekirina okukolebwa ku mmere effiikawo?" }, { "english": "Uganda exports some of its food to countries like South Sudan.", "luganda": "Uganda etwala emu ku mmere yaayo mu Sudan ow'e Bukiikaddyo." }, { "english": "We can control pests in the garden by using pesticides.", "luganda": "Tusobola okutangira ebiwuka mu nnimiro nga tukozesa eddagala erifuuyira ebiwuka." }, { "english": "Caterpillars attack crops like tomatoes and leafy vegetables.", "luganda": "Ebisaanyi birumba ebirime gamba nga ennyanya n'enva endiirwa eziba n'ebikoola ebigazi." }, { "english": "What are some of the post-harvest handling activities for maize?", "luganda": "Egimu ku mirimu egikolebwa oluvannyuma lw'okukungula kasooli gye kiruwa?" }, { "english": "After harvesting coffee it is put in the sun to dry.", "luganda": "Oluvannyuma lw'okukungula emmwanyi zaanikibwa mu musana zikale." }, { "english": "Poultry business can be carried out on a small piece of land.", "luganda": "Omulimu gw'okulunda enkoko gusobola okukolebwa mu kifo ekitono." }, { "english": "How often are domestic birds vaccinated?", "luganda": "Ebinnyonyi ebirundibwa awaka bigemebwa buli ddi?" }, { "english": "Every manufactured product has an expiry date.", "luganda": "Buli kimu ekiba kikoleddwa mu makolero kibaako olunnaku lw'omwezi lwe kiba nga kiyiseeko." }, { "english": "Motorcycles and trucks were allowed to move during the lockdown.", "luganda": "Pikipiki ne biroole byakkirizibwa okutambula mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "Market vendors and news anchors were allowed to work during the lockdown", "luganda": "Abakola mu butale ne bannamawulire bakkirizibwa okukola mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "District border restrictions were imposed during the second coronavirus wave.", "luganda": "Waateekebwawo amateeka agagaana okuva mu disitulikiti emu okudda mu ndala ku mulundi ogw'okubiri ogw'ekirwadde kya korona." }, { "english": "Of what benefit are agrochemical products to a farmer?", "luganda": "Eddagala ly'ebirime lya muganyulo ki eri abalimi?" }, { "english": "Most Ugandans rely on public transport for movement.", "luganda": "Bannayuganda abasinga obungi bakozesa entambula eya lukale." }, { "english": "During the lockdown boda-bodas were only allowed to transport cargo.", "luganda": "Mu kiseera ky'omuggalo bodaboda zaakkirizibwa kutwala miggugu gyokka." }, { "english": "Some farmers are dissatisfied with the quality of seeds distributed by the government.", "luganda": "Abalimi abamu si bamativu n'omutindo gw'ensigo gavumenti z'egaba." }, { "english": "Planting quality seeds boosts farm yields.", "luganda": "Okusiga ensigo ennungi kiviirako ebirime okubala." }, { "english": "We used to eat beans every day at school.", "luganda": "Twalyanga bijjajaalo buli lunaku ku ssomero." }, { "english": "What is the average household income in Uganda?", "luganda": "Okutwalira awamu eby'enfuna bya buli maka mu Uganda biri bitya?" }, { "english": "Some people fear borrowing loans from the bank.", "luganda": "Abantu abamu batya okwewola ssente mu bbanka." }, { "english": "Uganda's economy is comprised of both the public and private sectors.", "luganda": "Eby'enfuna bya Uganda birimu gavumenti n'abantu kinnoomu." }, { "english": "What are the conditions of borrowing money from a bank?", "luganda": "Obukwakkulizo obw'okwewola ssente mu bbanka bwe buluwa?" }, { "english": "He needs capital to start a business.", "luganda": "Yeetaaga ssente ez'okutandika bizineesi." }, { "english": "Coronavirus has affected all sectors of the economy.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kikoseza ebitongole byonna eby'enfuna." }, { "english": "What is the Gross Domestic Product of Uganda?", "luganda": "Eby'enfuna bya Uganda biri bitya?" }, { "english": "She is a professional accountant.", "luganda": "Mubalirizi w'ebitabo omutendeke." }, { "english": "Every financial year a certain amount of money is allocated to the repayment of national debts.", "luganda": "Ku buli mwaka gw'eby'enfuna wabaawo ssente eziteekebwawo okusasulira amabanja g'eggwanga." }, { "english": "Businessmen want to venture into profitable businesses.", "luganda": "Bannabyabusuubuzi baagala okwenyigira mu bizineesi ezirimu amagoba." }, { "english": "The banking sector gets profits from loan interests and bank charges.", "luganda": "Aba bbanka bafuna amagoba ku ssente ze baba bawoze ne ku mitemwa emirala egya bbanka." }, { "english": "How can businesses attain financial growth amidst the pandemic?", "luganda": "Bizineesi zisobola zitya okukulaakulana mu by'enfuna nga waliwo ekirwadde?" }, { "english": "What is required in opening up a bank account?", "luganda": "Kiki ekyetaagisa okusobola okuggulawo akawunta mu bbanka?" }, { "english": "He got the loan at ten percent interest.", "luganda": "Yeewola ssente nga waakusasulirako amagoba ga bitundu kkumi ku buli kikumi." }, { "english": "What is the role of the financial sector?", "luganda": "Ekitongole ky'eby'ensimbi kirina mulimu ki?" }, { "english": "What is the current population estimate of Uganda?", "luganda": "Abantu abateeberezebwa okuba mu Uganda mu kiseera kino bali bameka?" }, { "english": "What should one do if he loses his National Identity Card?", "luganda": "Kiki omuntu ky'alina okukola singa abuza e Ndagamuntu ye mu Uganda?" }, { "english": "Which companies are currently selling shares in Uganda?", "luganda": "Kampuni ki mu Uganda ezitunda emigabo gyaazo mu kiseera kino?" }, { "english": "There are different ways for one to invest his money.", "luganda": "Waliwo amakubo ag'enjawulo omuntu mw'ayinza okussa ssente ze." }, { "english": "Agricultural products have a ready market in Uganda.", "luganda": "Ebintu ebiva mu bulimi n'obulunzi birina akatale mu Uganda." }, { "english": "What causes foodborne infections?", "luganda": "Kiki ekireetera omuntu okufuna obulwadde ng'alidde emmere?" }, { "english": "With the current technology you can now order food online.", "luganda": "Olwa tekinologiya aliwo leero kati emmere osobola okugiragiriza ku mukutu." }, { "english": "The cost of living in urban areas is high.", "luganda": "Embeera y'obulamu mu bibuga eri waggulu nnyo." }, { "english": "Some of the goods sold in the market are highly perishable.", "luganda": "Ebimu ku bintu ebitundibwa mu butale byonooneka mangu." }, { "english": "Food in decent restaurants is a bit expensive.", "luganda": "Emiwendo gy'emmere giri wagguluko mu birabo by'emmere ebiyonjo." }, { "english": "He decorated the place with balloons.", "luganda": "Yakozesa bbaaluuni okuttimba ekifo." }, { "english": "You can eat food either at a restaurant hotel or at home.", "luganda": "Emmere osobola okugiriira mu birabo by'emmere mu wooteeri oba awaka." }, { "english": "Wash the fruits before eating them", "luganda": "Nnaaza ebibala nga tonnabirya." }, { "english": "Some markets are very congested and dirty.", "luganda": "Obutale obumu bubaamu abantu bangi ate nga bukyaafu." }, { "english": "Do not eat leftover food because it might be contaminated.", "luganda": "Tolya mmere ey'amawolu kubanga eyinza okuba ng'eyonoonese." }, { "english": "Bacteria germs viruses and parasites cause foodborne diseases.", "luganda": "Ebiwuka ebireeta endwadde bireetera emmere okubaamu obulwadde." }, { "english": "What are some of the waterborne diseases?", "luganda": "Ezimu ku ndwadde ezifunibwa mu mazzi ze ziruwa?" }, { "english": "Market vendors were required to sleep in markets during the lockdown.", "luganda": "Abakola mu butale baalina okusulanga mu butale mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "I wash my vegetable salads with warm water.", "luganda": "Enva zange endiirwa ez'okukolamu saladi nzozza n'amazzi agabuguma." }, { "english": "It was concluded that the recent general elections were free and fair.", "luganda": "Kyagambibwa nti okulonda kwa bonna okwakaggwa kwali kwa mazima na bwenkanya." }, { "english": "Politicians have to campaign in order to win an election.", "luganda": "Bannabyabufuzi balina okukuba kampeyini okusobola okuwangula okulonda." }, { "english": "Parliamentarians voted for the new speaker of parliament.", "luganda": "Ababaka ba palamenti baalonda omukubiriza wa palamenti omuppya." }, { "english": "Uganda's presidential term is five years.", "luganda": "Mu Uganda ekisanja ky'obwa pulezidenti kya myaka etaano." }, { "english": "How can we achieve political stability in the country?", "luganda": "Tusobola tutya okufuna obutebenkevu mu by'obufuzi mu ggwanga?" }, { "english": "I doubt she will survive this illness.", "luganda": "Mbusabuusa nti annawona obulwadde buno." }, { "english": "She visited the British embassy for a visa interview.", "luganda": "Yagenda ku kitebe kya Bungereza okubuuzibwa ebibuuzo ebikwata ku viza." }, { "english": "Uganda is a democratic country.", "luganda": "Uganda nsi erimu demokulasiya." }, { "english": "Eleven people contested for presidency in the recently concluded elections.", "luganda": "Abantu kkumi n'omu be baavuganya ku kifo ky'obwa pulezidenti mu kulonda okwakaggwa." }, { "english": "The army and police were deployed to make sure that the elections are peaceful.", "luganda": "Amaggye ne poliisi byakozesebwa okusobola okukakasa nti wabaawo okulonda okw'emirembe." }, { "english": "She found favor before her boss.", "luganda": "Mukama we yamwagala nnyo." }, { "english": "The president is also the chairman of the ruling party.", "luganda": "Pulezidenti era ye ssentebe w'ekibiina ekiri mu buyinza." }, { "english": "How can the government stop political violence?", "luganda": "Gavumenti esobola etya okukomya obukambwe mu by'obufuzi?" }, { "english": "Zanzibar is an island in Tanzania.", "luganda": "Zanzibar kazinga mu Tanzania." }, { "english": "Government plans to vaccinate all teachers and students before reopening schools.", "luganda": "Gavumenti eteekateeka okugema abasomesa bonna n'abayizi ng'amasomero tegannaggulwawo." }, { "english": "Standard Operating Procedures have helped in controlling the spread of coronavirus.", "luganda": "Obulagirizi obwateekebwawo buyambye nnyo mu kutangira okusaasaana kw'ekirwadde kya korona." }, { "english": "The coronavirus cases have reduced worldwide.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu abakwatibwa ekirwadde kya korona gukendedde nnyo mu nsi yonna." }, { "english": "People from the Northern part of Uganda are good athletes.", "luganda": "Abantu b'omu Bukiikakono bwa Uganda balungi nnyo mu by'emizannyo." }, { "english": "Two Ugandans won gold medals in the recently concluded Olympics.", "luganda": "Bannayuganda babiri baawangula emidaali gya zzaabu mu mpaka za olimpiki ezaakaggwa." }, { "english": "Your achievements can make you stand out from the rest.", "luganda": "By'oba otuuseeko bisobola okukuleetera okusukuluma ku balala." }, { "english": "Most athletes are thin.", "luganda": "Bannabyamizannyo abasinga obungi baba batono." }, { "english": "In the recently concluded Olympic games Uganda was the third in Africa.", "luganda": "Mu mpaka za Olimpiki ezaakaggwa Uganda yakwata kya kusatu mu Afirika." }, { "english": "The president gave out new cars for all the Ugandan Olympic gold medalists.", "luganda": "Pulezidenti yawa emmotoka empya bannayuganda bonna abaafuna emidaali egya zzaabu." }, { "english": "What is the current worth of gold?", "luganda": "Mu kiseera kino zzaabu wa muwendo ki?" }, { "english": "The gold medalists were more than the silver medalists.", "luganda": "Abaafuna emidaali egya zzaabu baali bangi okusinga abaafuna emidaali egya ffeeza." }, { "english": "How old is your husband?", "luganda": "Omwami wo mukulu kwenkana wa?" }, { "english": "Why are the Olympic games held?", "luganda": "Lwaki emizannyo gya Olimpiki gibaawo?" }, { "english": "Old people cannot actively participate in sports games.", "luganda": "Abantu abakuze mu myaka tebasobola kwenyigira nnyo mu by'emizannyo." }, { "english": "This year's Olympic games were held in Japan.", "luganda": "Emizannyo gya Olimpiki egy'omwaka guno gyali mu Japan." }, { "english": "Some athletes cannot afford to run marathons.", "luganda": "Abaddusi abamu tebasobola kuduka mbiro." }, { "english": "To some people their talent is their source of income.", "luganda": "Eri abantu abamu ebitone byabwe bye bibasobozesa okufuna ssente." }, { "english": "One of the Ugandans did not qualify for the Olympics because he was underweight.", "luganda": "Omu ku bannayuganda teyayitamu kuzannya gya Olimpiki kubanga obuzito bwe bwali wansi." }, { "english": "He participated in the five thousand meter race.", "luganda": "Yeeenyigira mu kudduka emisinde egya mita enkumi ttaano." }, { "english": "What is the importance of fasting?", "luganda": "Lwaki kikulu okusiiba?" }, { "english": "Fat people can hardly win a race.", "luganda": "Abantu abannene ennyo tebasobola kuwangula miside." }, { "english": "I used to actively participate in sports activities while in school.", "luganda": "Bwe nnali nkyali ku ssomero nneenyigiranga nnyo mu by'emizannyo." }, { "english": "How long is the journey from Kampala to Hoima district?", "luganda": "Olugendo okuva e Kampala okutuuka e Hoima lwenka wa obuwanvu?" }, { "english": "Who is the greatest athlete ever?", "luganda": "Ani munnabyamizannyo akyasinze okuba omulungi?" }, { "english": "Some athletes are good at running long distances.", "luganda": "Abaddusi abamu balungi mu kudduka engendo empaanvu." }, { "english": "At the age of thirty he had acquired a lot of wealth.", "luganda": "Ku myaka amakumi asatu yali afunye eby'obugagga bingi." }, { "english": "The Olympic gold medalists were recognized worldwide.", "luganda": "Abo abaafuna emidaali egya zzaabu mu Olimpiki baamanyika mu nsi yonna." }, { "english": "Which football team do you support?", "luganda": "Ttiimu ki ey'omupiira gw'ebigere gy'owagira?" }, { "english": "He is one of the fastest runners I know of.", "luganda": "Y'omu ku baddusi abasinga okudduka embiro gwe mmanyi." }, { "english": "The best three in the race were awarded medals.", "luganda": "Abasatu abaasinga mu misinde baaweebwa emidaali." }, { "english": "He was the third in the four hundred meter race.", "luganda": "Ye yali aw'okusatu mu misinde egya mita bina." }, { "english": "Which country will host the Olympics next time?", "luganda": "Nsi ki enneebaamu emizannyo gya Olimpiki omulundi oguddako?" }, { "english": "Running is a good exercise for the body.", "luganda": "Okudduka dduyiro mulungi nnyo eri omubiri." }, { "english": "He wanted to prove to everyone that he is rich.", "luganda": "Yayagala buli omu amanye nti mugagga." }, { "english": "She finished the race within forty seconds.", "luganda": "Emisinde yagimalira mu butikitiki amakumi ana." }, { "english": "Beijing is the capital city of China.", "luganda": "Beijing kye kibuga ekikulu ekya China." }, { "english": "The Olympic games are held after a period of four years.", "luganda": "Emizannyo gya Olimpiki gibaawo buli luvannyuma lw'ekiseera kya myaka ena." }, { "english": "He showed me his brand new car.", "luganda": "Yandaga emmotoka ye kapyata." }, { "english": "Her boss is an Indian.", "luganda": "Mukama we muyindi." }, { "english": "Winners never give up.", "luganda": "Abawanguzi tebawanika." }, { "english": "What are the steps to success?", "luganda": "Mitendera ki egiyitibwamu okutuuka ku buwanguzi?" }, { "english": "She did everything in order to win her parents' trust.", "luganda": "Yakola buli kimu okusobola okuleetera bazadde be okumwesiga." }, { "english": "It takes hard work and commitment to become a World Champion.", "luganda": "Kyetaagisa okukola ennyo era n'obumalirivu okusobola okufuka nnantammeggwa w'ensi yonna." }, { "english": "Some of the runners did not complete the marathon.", "luganda": "Abamu ku baddusi tebaamalako mbiro." }, { "english": "How many countries are under the commonwealth?", "luganda": "Ensi mmekka ezaaliko amatwale ga Bungereza?" }, { "english": "She was very happy to receive a bronze medal.", "luganda": "Yasanyuka nnyo okufuna omudaali ogw'ekikomo." }, { "english": "Which country organizes the commonwealth games?", "luganda": "Nsi ki etegeka emizannyo gy'ensi ezaaliko amatwale ga Bungereza?" }, { "english": "The incomplete building collapsed and killed a number of people.", "luganda": "Ekizimbe ekyali tekinnaggwa kyagwa ne kitta abantu abawerako." }, { "english": "Most primary school teachers are not satisfied with their salaries.", "luganda": "Abasomesa abasinga obungi aba pulayimale sibamativu n'omusaala gwaabwe." }, { "english": "The second best runner was awarded a silver medal.", "luganda": "Omuddusi eyakwata ekifo eky'okubiri yaweebwa omudaali ogwa ffeeza." }, { "english": "What are the rules to playing the high jump game?", "luganda": "Mateeka ki agalina okugobererwa mu muzannyo gw'okubuuka?" }, { "english": "High jump is a good game for tall people.", "luganda": "Okubuuka muzannyo mulungi eri abantu abawanvu." }, { "english": "After two years of hard work he became rich.", "luganda": "Oluvannyuma lw'emyka ebiri ng'akola nnyo yafuuka mugagga." }, { "english": "Countries sent representatives to play in the different Olympic games.", "luganda": "Ensi zaaweereza abazikiikirira okuzannya emizannyo egitali gimu mu mizannyo gya Olimpiki." }, { "english": "Uganda is one of the commonwealth countries.", "luganda": "Uganda y'emu ku nsi ezaaliko amatwale ga Bungereza." }, { "english": "She joined high school at eighteen years of age.", "luganda": "Yagenda mu sekendule ng'aweza emyaka kkumi na munaana egy'obukulu." }, { "english": "What does it take to become a world champion?", "luganda": "Kyetaagisa ki okufuuka nnantammegwa mu nsi yonna?" }, { "english": "He felt bad for not winning the race.", "luganda": "Yawulira bubi olw'obutawangula misinde." }, { "english": "He got a scholarship to study abroad.", "luganda": "Yafuna sikaala okusomera ebweru." }, { "english": "It is very good to make wise decisions in life.", "luganda": "Kirungi nnyo okusalawo obulungi mu bulamu." }, { "english": "A few Ugandans represented the country in the recently concluded Olympic Games.", "luganda": "Bannayuganda batono abaakiikirira eggwanga mu mizannyo gya Olimpiki egyakaggwa." }, { "english": "What is the least academic qualification a Member of Parliament should have?", "luganda": "Obuyigirize obusembayo okuba obwa wansi omuntu bw'alina okuba nabwo okuba omubaka wa palamenti bwe buluwa?" }, { "english": "Two Ugandans won in the different Olympic races.", "luganda": "Bannayuganda babiri baawangula mu misinde egy'enjawulo mu Olimpiki." }, { "english": "The fire kept burning after trying to extinguish it.", "luganda": "Omuliro gweyongera okwaka oluvannyuma lw'okugezaako okuguzikiza." }, { "english": "Each color of the traffic lights represents something.", "luganda": "Buli langi y'ebitaala by'oku nguudo ebirungaamya ebidduka erina ky'ekiikirira." }, { "english": "Which countries are qualified to host Olympic games?", "luganda": "Nsi ki ezirina ebisaanyizo by'okutegeka emizannyo gya olimpiki?" }, { "english": "Political candidates followed the Electoral Commission guidelines during their campaigns.", "luganda": "Bannabyabufuzi abeesimbawo baagoberera obulagirizi obwabaweebwa Akakiiko k'eby'okulonda mu kiseera ky'okukuba kampeyini." }, { "english": "Politicians campaigned via radios televisions and other media platforms.", "luganda": "Bannabyabufuzi kampeyini baazikubira ku leediyo ttivi ne ku mikutu emirala egy'eby'empuliziganya." }, { "english": "For the first time the country carried out scientific campaigns because of the pandemic.", "luganda": "Ku mulundi ogwasookera ddala mu ggwanga mwalimu kampeyini eza sayansi olw'ekirwadde." }, { "english": "The recently concluded elections were successfully concluded.", "luganda": "Okulonda okwakaggwa kwakomekerezebwa bulungi." }, { "english": "Do you know how to read a map?", "luganda": "Omanyi okusoma mmaapu?" }, { "english": "The chairman of the electoral commission announced the winner of the presidential elections.", "luganda": "Ssentebe w'akakiiko k'eby'okulonda yalangirira eyawangula okulonda kw'obwa pulezidenti." }, { "english": "With consistent revision she managed to pass with good grades.", "luganda": "Olw'okuba yasoma nnyo ebitabo yasobola okuyitira ku guleedi ennungi." }, { "english": "What criteria was followed by the electoral commission while nominating political candidates?", "luganda": "Nkola ki eyagobererwa akakiiko k'eby'okulonda mu kusunsula bannabyabufuzi abeesimbawo?" }, { "english": "How many Members of Parliament are in the eleventh parliament?", "luganda": "Ababaka bammeka aba palamenti abali mu palamenti ey'e kkumi n'emu?" }, { "english": "What is the local government comprised of?", "luganda": "Gavumenti ez'ebitundu zizingiramu ki?" }, { "english": "The headquarters of the electoral commission are located in Kampala.", "luganda": "Ekitebe ekikulu eky'akakiiko k'eby'okulonda kiri Kampala." }, { "english": "Public rallies were banned during last year's campaigns.", "luganda": "Enkungaana z'eby'obufuzi zaawerebwa mu kampeyini z'omwaka oguwedde." }, { "english": "There was a suggestion to postpone the two thousand twenty one general elections.", "luganda": "Waaliwo ekirowoozo ky'okwongerayo okulonda kwa bonna okw'omwaka nkumi bbiri mu abiri mu gumu." }, { "english": "What is the role of Members of parliament?", "luganda": "Ababaka ba palamenti balina mulimu ki?" }, { "english": "She is one of the prominent human rights activists.", "luganda": "Y'omu ku balwanirizi b'eddembe ly'obuntu abasinga obwattikirivu." }, { "english": "Why are most gates made out of metal?", "luganda": "Lwaki geeti ezisinga obungi zikolebwa mu byuma?" }, { "english": "My friend died in a car accident.", "luganda": "Mukwano gwange yafiira mu kabenje k'emmotoka." }, { "english": "Some ministers were not appointed this presidential term.", "luganda": "Baminisita abamu tebaalondebwa mu kisanja kino ekya pulezidenti." }, { "english": "Ten people died in a car accident.", "luganda": "Abantu kkumi baafiira mu kabenje k'emmotoka." }, { "english": "The police warned the public against mob justice.", "luganda": "Poliisi yalabula abantu ku ky'okutwalira amateeka mu ngalo." }, { "english": "Young girls should avoid early pregnancies.", "luganda": "Abawala abato balina okwewala okufuna embuto nga bakyali bato." }, { "english": "Some television shows are educative.", "luganda": "Ebintu ebimu ebiba ku ttivi biyigiriza." }, { "english": "Youths actively participated in the two thousand twenty one general elections.", "luganda": "Abavubuka beenyigira nnyo mu kulonda kwa bonna okwa nkimi bbiri mu abiri mu gumu." }, { "english": "She received an award for being the best performer.", "luganda": "Yafuna awaadi olw'okuba ye yasinga okukola obulungi." }, { "english": "There are several international students at the university.", "luganda": "Ku yunivasite kuliko abayizi bangi abava mu nsi ezitali zimu." }, { "english": "The head offices of the organization are located on the outskirts of Kampala.", "luganda": "Ekitebe ekikulu eky'ekibiina kiri bbali wa Kampala." }, { "english": "Different people have come up to fight against racism.", "luganda": "Abantu abatali bamu bavuddeyo okulwanyisa obusosoze mu langi." }, { "english": "We sent our condolences to the family of the deceased.", "luganda": "Twaweereza obubaka obukubagiza eri ab'omu maka g'omugenzi." }, { "english": "As one of the coronavirus restrictions only twenty people are allowed to attend burials.", "luganda": "Olw'amateeka g'ekirwadde kya korona abantu amakumi abiri bokka be bakkirizibwa okubaawo mu kuziika." }, { "english": "What was the cause of the riot?", "luganda": "Kiki ekyaviirako okwekalakaasa?" }, { "english": "Some young children have got pregnant during this pandemic.", "luganda": "Abaana abamu bafunye embuto mu kiseera kino eky'omuggalo." }, { "english": "How can we stop domestic violence in homes?", "luganda": "Tuyinza tutya okukomya obusambatuko mu maka?" }, { "english": "You need to have priorities in life.", "luganda": "Olina okubaako ebikulu by'okulembeza mu bulamu." }, { "english": "What causes gender-based violence?", "luganda": "Kiki ekiviirako obusambatuko?" }, { "english": "There has been an increase in the number of defilement and rape cases.", "luganda": "Wabaddewo okweyongerayongera mu bikolwa by'okukwata abakazi n'okukabasanyizibwa." }, { "english": "Parents are encouraged to make proper planning for their children.", "luganda": "Abazadde bakubirizibwa okukolera abaana baabwe enteekateeka ennungi." }, { "english": "What is the cost of holding a press conference?", "luganda": "Ssente mmeka ezeetaagisa okusobola okuba n'olukungaana lwa bannamawulire?" }, { "english": "Some Non-Government Organizations provide care for children with disabilities.", "luganda": "Ebibiina by'obwannakyewa ebimu birabirira abaana abaliko obulemu." }, { "english": "At least most people can afford a smartphone these days.", "luganda": "Waakiri abantu abasinga obungi ennaku zino basobola okugula essimu eza simaati." }, { "english": "How can countries prepare themselves for future pandemics?", "luganda": "Ensi zisobola zitya okwetegekera endwadde mu biseera eby'omu maaso?" }, { "english": "Every tribe in Uganda has its own language.", "luganda": "Buli ggwanga mu Uganda lirina olulimi lwalyo." }, { "english": "His elbow twisted when he fell from the building.", "luganda": "Olukokola lwe lwakyuka bwe yagwa okuva waggulu ku kizimbe." }, { "english": "He bought his motorcycle on credit.", "luganda": "Pikipiki ye yagigulira ku bbanja." }, { "english": "The spokesperson of the police warned people against violating the curfew time.", "luganda": "Omwogezi wa poliisi yalabula abantu ku ky'okutyobola amateeka ga kafiyu." }, { "english": "What happens to the people that are kidnapped?", "luganda": "Kiki ekituuka ku bantu ababa bawambiddwa?" }, { "english": "Her father is a police officer.", "luganda": "Kitaawe wa poliisi." }, { "english": "Careless road users cause accidents on the road.", "luganda": "Abateegendereza ku makubo baviirako obubenje ku makubo." }, { "english": "What are some of the challenges faced by traffic officers?", "luganda": "Okumu ku kusoomooza poliisi y'ebidduka kw'eyolekaganye nakwo kwe kuluwa?" }, { "english": "At what time is the curfew?", "luganda": "Kafiyu ebaawo ssaawa mmeka?" }, { "english": "Some people are arrested for crimes they did not commit.", "luganda": "Abantu abamu bakwatibwa olw'emisango gye batazza." }, { "english": "Police arrested people for defying the president's directives.", "luganda": "Poliisi yakwata abantu olw'okutyoboola ebiragiro bya pulezidenti." }, { "english": "The president announced that churches are still on lockdown for the next sixty days.", "luganda": "Pulezidenti yalangirira nti amakanisa gakyali ku muggalo okumala ennaku endala nkaaga." }, { "english": "Under what conditions can the police arrest someone?", "luganda": "Mu mbeera ki poliisi w'esobola okukwatira omuntu?" }, { "english": "Religious leaders conduct their prayers via media platforms.", "luganda": "Abakulembeze b'eddiini bakubiriza okusaba kwabwe okuyitira ku mikutu gy'eby'empuliziganya." }, { "english": "Most of the police stations are very small to accommodate a big number of criminals.", "luganda": "Poliisi nnyingi ntono era tezisobola kubaamu bazzi b'emisango abangi ennyo." }, { "english": "Praying is the way of communicating with God.", "luganda": "Okusaba ye ngeri y'okwogeramu ne Katonda." }, { "english": "He has a very big congregation.", "luganda": "Alina ekibiina ky'abakkiriza kinene." }, { "english": "The thieves fled on hearing the police sirens.", "luganda": "Ababbi baadduka bwe baawulira akagombe k'emmotoka ya poliisi." }, { "english": "A number of people died on the boat cruise in two thousand eighteen.", "luganda": "Abantu abawerako baafiira mu kabenje k'eryato mu nkmi bbiri mu kkumi na munaana." }, { "english": "Lake Albert is the seventh largest lake in Africa.", "luganda": "Ennyanja Albert ye y'omusanvu mu bunene mu nnyanja eziri mu Afirika." }, { "english": "During the second wave of coronavirus Uganda suffered a shortage of oxygen in hospitals.", "luganda": "Ku mulundi ogw'okubiri ogw'ekirwadde kya korona Uganda teyalina mukka gwa okisijeeni gumala mu malwaliro." }, { "english": "Fishing is the basic economic activity on Lake Victoria.", "luganda": "Okuvuba gwe mulimu ogusinga okukolebwa ku Nnyanja Nalubaale." }, { "english": "Religious leaders condemned the police shootings that took place in November two thousand twenty.", "luganda": "Abakulembeze b'eddiini baanenya nnyo poliisi olw'abantu abaakubibwa amasasi mu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu mu nkumi bbiri mu abiri." }, { "english": "She got married at the age of twenty three years.", "luganda": "Yafumbirirwa ku myaka egy'obukulu abiri mu esatu." }, { "english": "We suspect that her husband killed her.", "luganda": "Tuteebereza nti bba yamutta." }, { "english": "Police forces should be trained on how to carry out investigations.", "luganda": "Poliisi erina okutendekebwa ku ngeri y'okukolamu okunoonyereza." }, { "english": "During the riot a stray bullet hit a child in the head.", "luganda": "Mu kwekalakaasa essasi lyawaba ne likuba omwana ku mutwe." }, { "english": "At the age of fifteen years she was a victim of rape.", "luganda": "Yakakibwa mu kikolwa eky'okwegatta ng'aweza emyaka egy'obukulu kkumi n'ettaano." }, { "english": "Government hospitals offer medical services at a fair cost.", "luganda": "Amalwaliro ga gavumenti gajjanjabira ku ssente ntonotono." }, { "english": "It is said that money is the source of all evil.", "luganda": "Kigambibwa nti ssente ye nsibuko ya buli kimu ekibi." }, { "english": "During my internship I offered voluntary services to the company.", "luganda": "Bwe nnali mu kwegezaamu kampuni nnagikolera ku bwereere." }, { "english": "The general public has positively responded to wearing masks during this season.", "luganda": "Abantu okutwalira awamu bakkirizza okwambala masiki mu kiseera kino." }, { "english": "She enrolled for a bachelor's course in law at the university", "luganda": "Yeewandiisa ku yunivasite okukola diiguli ye eya bbakyala mu mateeka." }, { "english": "What happens to the person who breaches a contract?", "luganda": "Kiki ekituuka ku muntu bw'amenya kuntulakita?" }, { "english": "In some cultures people wear black clothes at the burial ceremony.", "luganda": "Mu buwangwa obumu abantu bambaala engoye enzirugavu ku mukolo gw'okuziika." }, { "english": "Some people are not trustworthy.", "luganda": "Abantu abamu tebeesigika." }, { "english": "The government compensated some people in places where new roads are to be constructed.", "luganda": "Gavumenti yaliyirira abantu abamu mu bifo amakubo amapya gye gagenda okuzimbibwa." }, { "english": "The government has sensitized the public on coronavirus through advertisements.", "luganda": "Gavumenti esomesezza abantu ebikwata ku kirwadde kya korona okuyitira mu bulango." }, { "english": "The president has privately given money to some individuals.", "luganda": "Pulezidenti alina ssente ye kennyini z'awadde abantu abamu." }, { "english": "She was wearing a yellow shirt with a pair of blue jeans.", "luganda": "Yali ayambadde esatu eya kyenvu ne giini eya bbulu." }, { "english": "He wasted a lot of time during his youthful age.", "luganda": "Yayonoona ebiseera bingi nnyo mu myaka gye egy'obuvubuka." }, { "english": "Human rights ought to be respected.", "luganda": "Eddembe ly'obuntu lirina okussibwamu ekitiibwa." }, { "english": "What causes domestic violence in homes?", "luganda": "Kiki ekiviirako obusambatuko mu maka?" }, { "english": "It seems the police is reluctant in making certain investigations.", "luganda": "Kirabika poliisi tefaayo kukola okunoonyereza okumu." }, { "english": "What is the best way to solve domestic violence cases?", "luganda": "Ngeri ki esingayo obulungi ey'okugonjolamu obusambattuko mu maka?" }, { "english": "Over thirty seven people were victims of the shooting.", "luganda": "Abantu abasukka mu amakumi asatu mu musanvu be baakubibwa amasasi." }, { "english": "Is it possible to completely end land wrangles in Uganda?", "luganda": "Ddala kisobola okumalirawo ddala enkaayana z'eby'ettaka mu Uganda?" }, { "english": "Business people are complaining about the new taxes imposed on them.", "luganda": "Bannabyabusuubuzi beemulugunya ku misolo emipya gye babataddeko." }, { "english": "Where is your place of residence?", "luganda": "Obeera wa?" }, { "english": "She had bruises on her face.", "luganda": "Yalina ebinuubule ku maaso." }, { "english": "He is not on good terms with his neighbors.", "luganda": "Talina nkolagana nnungi ne muliraanwa we." }, { "english": "The deceased's body was thrown into the lake.", "luganda": "Omulambo gw'omugenzi gwasuulibwa mu nnyanja." }, { "english": "He invested his money in constructing rentals.", "luganda": "Ssente ze yaziteeka mu kuzimba nnyumba z'abapangisa." }, { "english": "We live in Rubaga sub-county.", "luganda": "Tubeera mu ggombolola y'e Rubaga." }, { "english": "She hid under the bed.", "luganda": "Yeekweka wansi w'ekitanda." }, { "english": "Couples with misunderstandings need to visit a marriage counselor.", "luganda": "Abafumbo ababa n'obutategeregana balina okukyalira abo ababuulirira abafumbo." }, { "english": "During the lockdown most families could afford only one meal a day.", "luganda": "Mu kiseera ky'omuggalo amaka agasinga obungi gaali gasobola kulya kimu kyokka olunaku." }, { "english": "Her young brother is in senior one.", "luganda": "Mwannyina omuto ali mu siniya essooka." }, { "english": "Nobody knows his home address.", "luganda": "Tewali amanyi waabwe." }, { "english": "Some crimes are due to alcohol and drugs.", "luganda": "Emisango egimu gizzibwa olw'ettamiiro n'okukozesa ebiragalalagala." }, { "english": "What is the purpose of carrying out investigations?", "luganda": "Kigendererwa ki ekiri mu kukola okunoonyereza?" }, { "english": "What punishment is given to people who are non-tax compliant?", "luganda": "Kibonerezo ki ekiweebwa abantu abatasasula misolo?" }, { "english": "High production costs could lead to a rise in the price of the products.", "luganda": "Ebintu bwe bikolebwa ku miwendo egya waggulu kiviirako bbeeyi y'ebintu okulinya." }, { "english": "What are the qualities of a good salesman?", "luganda": "Kitunzi omulungi alina kuba na ngeri ki?" }, { "english": "There are a number of beverage companies in Uganda.", "luganda": "Mu Uganda mulimu kampuni nnyingi ezikola eby'okunnywa." }, { "english": "What is the name of your company?", "luganda": "Kampuni yo eyitibwa etya?" }, { "english": "Your mother will blame you for being careless.", "luganda": "Maama wo ajja kukunenya olw'okuba omugayaavu." }, { "english": "You have to provide evidence of that crime.", "luganda": "Olina okuwa obujulizi obukwata ku musango ogwo." }, { "english": "The football team organized a small party to celebrate their victory.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira yateeseteese akabaga okujjaganya olw'obuwanguzi." }, { "english": "The thieves' faces could not be recognized because they were wearing face masks.", "luganda": "Feesi z'ababbi zaali tezisobola kumanyika kubanga baali bambadde obukookoolo." }, { "english": "The children were eager to visit their grandparents in the village.", "luganda": "Abaana baali beesunga okukyalira bajjajjabwe mu kyalo." }, { "english": "You delayed applying for that job.", "luganda": "Walwawo okusaba omulimu ogwo." }, { "english": "Many football games were postponed due to the coronavirus pandemic.", "luganda": "Emizannyo mingi egy'omupiira gw'ebigere gyayongezebwayo olw'ekirwadde kya korona." }, { "english": "Firefighters are battling to save people's properties in the building.", "luganda": "Abazimyamoto balwana okuwonyaawo ebintu by'abantu mu kizimbe." }, { "english": "The politician's house is surrounded by the army.", "luganda": "Ennyumba y'omunnabyabufuzi yeetoolooddwa amaggye." }, { "english": "There is no other way to solve this problem.", "luganda": "Tewaliiwo ngeri ndala yonna ya kugonjoolamu kizibu kino." }, { "english": "Eight people are contesting for the office of president.", "luganda": "Abantu munaana bavuganya ku kifo ky'owa pulezidenti." }, { "english": "The property of the deceased will be distributed equally amongst his children.", "luganda": "Ebintu by'omugenzi bijja kugabanyizibwamu kyenkanyi eri abaana be." }, { "english": "She was determined to sell all her property and leave the village.", "luganda": "Yali amaliridde okutunda ebintu bye byonna ave mu kyalo." }, { "english": "All students will go home for a two weeks holiday.", "luganda": "Abaana bonna bajja kuddayo ekka mu luwummula okumala wiiki bbiri." }, { "english": "He saves part of his salary every month.", "luganda": "Alina ky'aterekako ku musaala gwe buli mwezi." }, { "english": "My friend talked to the investors about his business idea.", "luganda": "Mukwano gwange yayogedde n'abasiga nsimbi ku kirowoozo ekikwata ku bizineensi ye." }, { "english": "The winning team scored only one goal.", "luganda": "Ttiimu eyawangula yateeba ggoolo emu yokka." }, { "english": "I warned him not to take alcohol to school.", "luganda": "Nnamulabula obutatwala mwenge ku ssomero." }, { "english": "The hotel manager allowed me to share this room with you.", "luganda": "Maneja wa wooteeri yanzikkiriza okubeera mu kisenge kino naawe." }, { "english": "You will be punished for coming late to school.", "luganda": "Ojja kubonerezebwa olw'okujja ekikeerezi ku ssomero." }, { "english": "The bullet hit him in the chest.", "luganda": "Essasi lyamukuba mu kifuba." }, { "english": "That football team has not scored any goal during this season.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira eyo tennateeba ggoolo yonna mu sizoni eno." }, { "english": "The striker was in a good position to score a goal but he failed.", "luganda": "Omuteebi yali mu kifo ekirungi okusobola okuteeba ggoolo naye yalemererwa." }, { "english": "The team scored a goal two minutes before the break.", "luganda": "Ttiimu yateeba ggoolo ng'ebulayo eddakiika bbiri okuwummulamu kutuuke." }, { "english": "She used a big stick to beat the snake.", "luganda": "Yakozesa omuggo omunene okutta omusota." }, { "english": "Who is supposed to sweep the classroom today?", "luganda": "Ani alina okweera ekibiina leero?" }, { "english": "She has coached the netball team for several years.", "luganda": "Attendese ttiimu y'omupiira gw'okubaka okumala emyaka egiwerako." }, { "english": "The whole family decided to break down the house and reconstruct it again.", "luganda": "Ab'omu maka bonna baasalawo okumenya ennyumba baddemu okugizimba." }, { "english": "I cannot leave this house without my children.", "luganda": "Ssisobola kuva mu nnyumba eno nga ssirina baana bange." }, { "english": "I would like to see your graduation pictures.", "luganda": "Nnandyagadde okulaba ku bifaananyi by'amattikira go." }, { "english": "Most people in the world are working hard to have a better future.", "luganda": "Abantu abasinga obungi mu nsi bakola nnyo okusobola okuba n'obulamu obulungi mu biseera eby'omu maaso." }, { "english": "The football player was given two yellow cards in one game.", "luganda": "Omuzannyi w'omupiira gw'ebigere yaweebwa kaadi bbiri eza kyenvu mu muzannyo gumu." }, { "english": "The football team scored a goal in the seventy ninth minute of the game.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira gw'ebigere yateeba ggoolo mu ddakiika ey'ensavu mu mwenda mu muzannyo." }, { "english": "The visitors left without eating anything.", "luganda": "Abagenyi baagenze tebalidde kintu kyonna." }, { "english": "The referee canceled their goal.", "luganda": "Ddifiiri yasazaamu ggoolo yaabwe." }, { "english": "What was your father's reaction when you told him that you are getting married?", "luganda": "Taatawo yakola ki bwe wamugamba nti ogenda kufumbirwa?" }, { "english": "She got an opportunity to study in America.", "luganda": "Yafuna akakisa okusomera mu America." }, { "english": "He became an orphan at the age of five.", "luganda": "Yafuuka mulekwa nga wa myaka etaano egy'obukulu." }, { "english": "The football team has missed all its chances to score a goal.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira gw'ebigere effiiriddwa emikisa gyaayo gyonna egy'okuteeba ggoolo." }, { "english": "The company advertised so many jobs in April this year.", "luganda": "Kampuni yalanga emirimu mingi mu mwezi ogw'okuna omwaka guno." }, { "english": "Do you have food to eat today?", "luganda": "Olina emmere gy'onnolya leero?" }, { "english": "I managed to pay my bank loan during the lockdown.", "luganda": "Nnasobola okusasula looni yange eya bbanka mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "I have never seen that family celebrate their children's birthdays.", "luganda": "Amaka ago ssigalabangako nga gakuza amazaalibwa g'abaana baabwe." }, { "english": "The thief grabbed my handbag and ran.", "luganda": "Omubbi yansikako akasawo kange ak'omu ngalo n'adduka." }, { "english": "The sports meeting was held at Namboole stadium.", "luganda": "Olukungaana lw'emizannyo lwali Namboole ku kisaawe." }, { "english": "He is celebrating ten years of priesthood.", "luganda": "Ajjaguza emyaka kkumi gy'amaze nga musosodooti." }, { "english": "I need to renew my contract before it expires.", "luganda": "Nneetaaga okuzza obujja kontulakita yange nga tennaggwaako." }, { "english": "She started working in this company as a cleaner.", "luganda": "Yatandika okukola mu kampuni eno ng'ayonja." }, { "english": "I have an interest in learning new languages.", "luganda": "Njagala nnyo okuyiga ennimi endala." }, { "english": "My uncle was fired from his previous job.", "luganda": "Kojja wange yagobebwa ku mulimu gw'abadde akola." }, { "english": "I cannot betray my country.", "luganda": "Ssisobola kulya mu nsi yange lukwe." }, { "english": "Students need to start applying for internship before the semester ends.", "luganda": "Abayizi balina okutandika okusaba okwegezaamu ng'olusoma luno terunnakoma." }, { "english": "The president may extend the lockdown for more three weeks.", "luganda": "Pulezidenti ayinza okwongezaayo omuggalo okumala wiiki endala ssatu." }, { "english": "I do not want any member of my family to be involved in politics.", "luganda": "Ssaagala muntu yenna ow'omu maka gaffe kwenyigira mu bya bufuzi." }, { "english": "Entebbe International Airport is the major international airport in Uganda.", "luganda": "Ekisaawe ky'ennyonyi eky'Entebbe kye kisinga obunene mu bisaawe by'ennyonyi mu Uganda." }, { "english": "He sold to me expired bread.", "luganda": "Yanguza omugaati oguyiseeko ennaku." }, { "english": "We should write a letter to thank our supporters.", "luganda": "Tulina okuwandiika ebbaluwa okwebaza abawagizi baffe." }, { "english": "I have not achieved my goals for the year because of the pandemic.", "luganda": "Ssituuse ku biruubirirwa byange eby'omwaka olw'ekirwadde." }, { "english": "Entebbe International Airport is undergoing renovation.", "luganda": "Ekisaawe ky'ennyonyi eky'Entebbe kiri mu kudaabirizibwa." }, { "english": "He bought a plot of land for his mother.", "luganda": "Yagulira maama we poloti y'ettaka." }, { "english": "My nephew is in senior one.", "luganda": "Omwana wa muganda wange ali mu siniya essooka." }, { "english": "It is very expensive to buy land in town.", "luganda": "Ettaka mu kibuga ligula ssente nnyingi nnyo." }, { "english": "He bought more land to expand his farming activities.", "luganda": "Yagula ettaka eddala okusobola okugaziya ku mirimu gye egy'okulima n'okulunda." }, { "english": "He is the director of the civil aviation authority.", "luganda": "Ye dayirekita w'entambula y'ennyonyi." }, { "english": "The government of Uganda sensitized the public about the outbreak of Polio.", "luganda": "Gavumenti ya Uganda yategeeza abantu ku bikwata ku kirwadde kya poliyo." }, { "english": "The National Water and Sewerage corporation company distributes water to people.", "luganda": "Ekitongole ky'amazzi n'entambula ya kazambi kigabira abantu amazzi." }, { "english": "The Uganda Electricity Board is responsible for power generation in Uganda.", "luganda": "Ekitongole kya Uganda eky'amasanyalaze kivunaanyizibwa ku kukola amasanyalaze mu Uganda." }, { "english": "He is a lawyer.", "luganda": "Ye munnamateeka." }, { "english": "He scored the winning goal in the game.", "luganda": "Yateeba ggoola empanguzi mu muzannyo." }, { "english": "They won the league title with ninety points.", "luganda": "Liigi baagiwangulira ku bubonero kyenda." }, { "english": "He is the French national football team coach.", "luganda": "Ye mutendesi Omufaalansa owa ttiimu y'eggwanga ey'omupiira gw'ebigere." }, { "english": "It is the most successful football team in Germany.", "luganda": "Ye ttiimu y'omupiira gw'ebigere esinga okukola obulungi mu Bugirimaani." }, { "english": "Uganda failed to qualify for next year's African cup of Nations.", "luganda": "Uganda yalemererwa okuyitamu okuzannya ogw'ekikopo ky'amawanga g'Afirika omwaka ogujja." }, { "english": "The government bought new ambulances.", "luganda": "Gavumenti yagula ambyulensi empya." }, { "english": "He asked for the price of a new bicycle.", "luganda": "Yabuuza bbeeyi y'egaali empya." }, { "english": "He was thrown out of his hotel room after failing to pay.", "luganda": "Yagobebwa mu kisenge kya wooteeri olw'okulemererwa okusasula." }, { "english": "My cousin brother was asked to repeat the class.", "luganda": "Kizibwe wange yasabibwa okuddamu ekibiina." }, { "english": "Travelers had to pay for their hotel rooms where they were quarantined.", "luganda": "Abatambuze baalina okwesasulira ebisenge bya wooteeri gye baali babatadde mu kalantiini." }, { "english": "His father owns apartments in the city.", "luganda": "Kitaawe alina amayumba mu kibuga." }, { "english": "He earns four hundred thousand every month", "luganda": "Afuna emitwalo amakumi ana buli mwezi." }, { "english": "She was the first female speaker of parliament.", "luganda": "Ye yasooka okuba omukubiriza wa palamenti omukazi." }, { "english": "He is the former minister of foreign affairs.", "luganda": "Ye yali minisita w'ensonga z'ebweru." }, { "english": "The Ministry of Health received donations from several organizations in the fight against coronavirus.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulamu kyatonerwa ebintu bingi okuva mu bibiina ebitali bimu okusobola okulwanyisa ekirwadde kya korona." }, { "english": "He sends money to his parents every month.", "luganda": "Aweereza bazadde be ssente buli mwezi." }, { "english": "Passengers were requested to present a coronavirus test results card before traveling.", "luganda": "Abasabaze baasabibwa okulagayo kaadi zaabwe eziraga nti baakeberebwa ekirwadde kya korona nga tebannatambula." }, { "english": "All people entering Uganda have to be quarantined.", "luganda": "Abantu bonna abayingira mu Uganda balina okuteekebwa mu kalantiini." }, { "english": "We are all required to go for medical checkups before returning to school.", "luganda": "Ffenna kitwetaagisa okugenda okukeberebwa nga tetunnaddayo ku ssomero." }, { "english": "He failed to get the fees to register for his Primary Leaving Examinations.", "luganda": "Yalemererwa okufuna ssente ez'okwewandiisa okukola ebibuuzo eby'eky'omusanvu eby'akamalirizo." }, { "english": "The company asked us to take letters from our village chairpersons.", "luganda": "Kampuni yatusaba okutwala amabaluwa okuva ewa ssentebe waffe ow'ekyalo." }, { "english": "The government promised to give food to people in Kampala and Wakiso districts.", "luganda": "Gavumenti yasuubiza okuwa emmere abantu b'omu disitulikiti y'e Kampala ne Wakiso." }, { "english": "He works as a security guard at the airport.", "luganda": "Akola ng'omukuumi ku kisaawe ky'ennyonyi." }, { "english": "I booked our flight tickets from Uganda to Nairobi.", "luganda": "Nnagula tikiti y'ennyonyi okuva mu Uganda okudda e Nairobi." }, { "english": "The government plans to bring back Ugandans who are stranded in other countries.", "luganda": "Gavumenti eteekateeka okukomyawo Bannayuganda abakonkomalidde mu nsi endala." }, { "english": "He lost his parliamentary seat.", "luganda": "Yafiirwa ekifo kye eky'omubaka wa palamenti." }, { "english": "Most schools punish students for speaking vernacular while at school.", "luganda": "Amasomero agasinga obungi gabonereza abaana olw'okwogera ennimi zaabwe enzaaliranwa ku ssomero." }, { "english": "His mother was Uganda's ambassador to Kenya.", "luganda": "Maama we yali mubaka wa Uganda mu Kenya." }, { "english": "Registration for first-year students begins on the seventh of May this year.", "luganda": "Okuwandiika abayizi ab'omwaka ogusooka kutandika nga musanvu mu mwezi ogw'okutaano omwaka guno." }, { "english": "Many countries have closed their border points so as to minimize the spread of coronavirus.", "luganda": "Ensi nnyingi ziggaddewo ensalo zaazo okusobola okutangira okusaasaana kw'ekirwadde kya korona." }, { "english": "The tickets for today's football match are very expensive.", "luganda": "Tikiti ez'omupiira gw'ebigere ogwa leero za buseere nnyo." }, { "english": "Most employees are ignorant about the employment laws in Uganda.", "luganda": "Abakozi abasinga obungi mu Uganda tebamanyi mateeka gakwata ku kukozesebwa mu Uganda." }, { "english": "The public demand government to release the people who were arrested during the campaigns.", "luganda": "Abantu baagala gavumenti esumulule abo abaakwatibwa mu kiseera kya kampeyini." }, { "english": "It was an honor to host the bishop at our home.", "luganda": "Kibadde kya kitiibwa nnyo okukyaza bisoopu mu maka gaffe." }, { "english": "She wears high heels while in the newsroom.", "luganda": "Ayambala engato z'obukondo obuwanvu ng'ali mu kisenge ky'amawulire." }, { "english": "Who is the Lord Mayor of Kampala city?", "luganda": "Ani Meeya Omuloodi owa Kampala?" }, { "english": "He did not hide his feelings towards her.", "luganda": "Teyakweka nneewulira ye gy'ali." }, { "english": "Her job application was rejected.", "luganda": "Okusaba kwe okw'omulimu kwagaanibwa." }, { "english": "For the first time the president appointed a female prime minister.", "luganda": "Omulundi ogusookedde ddala pulezidenti yalonda ssabaminisita omukazi." }, { "english": "Expired goods are not good for consumption.", "luganda": "Ebintu ebiba biyiseeko ennaku tebiba birungi kuliibwa." }, { "english": "The Lord Mayor appoints a deputy of his choice.", "luganda": "Meeya Omuloodi yeerondera omumyuka we gw'ayagala." }, { "english": "What is the role of the Deputy Lord Mayor?", "luganda": "Omumyuka wa Meeya Omuloodi alina mulimu ki?" }, { "english": "She has a small flower garden.", "luganda": "Alina akalimiro akatono ak'ebimuli." }, { "english": "He is a former student of Makerere University.", "luganda": "Yaliko omuyizi wa yunivasite y'e Makerere." }, { "english": "Who is the minister of finance?", "luganda": "Ani minisita w'eby'ensimbi?" }, { "english": "My friend got her work appointment letter today.", "luganda": "Mukwano gwange yafunye leero ebbaluwa emukakasa ku mulimu." }, { "english": "She handed in her resignation letter two months ago.", "luganda": "Yawaayo ebbaluwa ye ey'okulekulira omulimu emyezi ebiri egiyise." }, { "english": "Makerere University postponed its graduation ceremony because of the pandemic.", "luganda": "Yunivasite y'e Makerere yayongezaayo omukolo gw'okuttikira olw'ekirwadde." }, { "english": "What is the retirement age for government workers?", "luganda": "Abakozi ba gavumenti bawummulira ku myaka emmeka egy'obukulu?" }, { "english": "Local councilors are elected by the people.", "luganda": "Ba kansala b'ekitundu balondebwa bantu." }, { "english": "How old is the deputy Lord Mayor?", "luganda": "Omumyuka wa Meeya Omuloodi yeenkana wa obukulu?" }, { "english": "The nursery school I attended closed a long time ago.", "luganda": "Essomero lya nasale lye nnasomeramu lyaggalwawo dda." }, { "english": "She never continued with school after her senior four.", "luganda": "Teyeeyongerayo na kusoma bwe yamalako siniya ey'okuna." }, { "english": "Police officers are important people in our society today.", "luganda": "Abapoliisi bantu bakulu nnyo mu bitundu byaffe leero." }, { "english": "Government scholarships have given students an opportunity to study at the university.", "luganda": "Sikaala za gavumenti ziwadde abayizi akakisa okusomera mu yunivasite." }, { "english": "He wants to enrol for a postgraduate degree.", "luganda": "Ayagala kwewandiisa okukola diiguli ye ey'okubiri." }, { "english": "She attained her bachelor's degree from Makerere University.", "luganda": "Diiguli ye eya bbakyala yagifuunira mu yunivasite y'e Makerere." }, { "english": "All current Members of Parliament were elected into office.", "luganda": "Ababaka ba palamenti bonna abaliwo mu kiseera kino baalondebwa bulondebwa." }, { "english": "University guild presidents are elected every academic year.", "luganda": "Omukulembeze w'abayizi ku yunivasite alondebwa buli mwaka." }, { "english": "He has written a number of books.", "luganda": "Awandiise ebitabo ebiwerako." }, { "english": "What are the conditions of publishing a book in Uganda?", "luganda": "Obukwakulizo bw'okufulumya ekitabo mu Uganda bwe buluwa?" }, { "english": "What is the number of confirmed coronavirus cases in Uganda?", "luganda": "Abantu abakakasiddwa okukwatibwa ekirwadde kya korona mu Uganda bali bameka?" }, { "english": "How many people recovered from coronavirus in Uganda?", "luganda": "Bantu bameka abaawona ekirwadde kya korona mu Uganda?" }, { "english": "There were more severe cases in the second wave of coronavirus in Uganda.", "luganda": "Waaliwo abantu bangi abaayisibwa obubi ennyo mu kitundu eky'okubiri eky'ekirwadde kya korona mu Uganda." }, { "english": "Some masks are made out of clothes.", "luganda": "Masiki ezimu zikolebwa mu ngoye." }, { "english": "Campaigns are expensive to fund.", "luganda": "Kampeyini zitwala ssente nnyingi nnyo." }, { "english": "You cannot enter certain places without wearing a mask.", "luganda": "Waliwo ebifo gy'otasobola kuyingira nga toyambadde masiki." }, { "english": "Security cameras on the road have assisted police in investigations.", "luganda": "Kamera ez'eby'okwerinda eziri ku makubo ziyambye poliisi mu kunoonyereza." }, { "english": "As a result of the pandemic most schools in Uganda have adopted electronic learning.", "luganda": "Olw'ekirwadde ekiriwo amasomero agasinga obungi mu Uganda gasomesezza ku yintaneeti." }, { "english": "The high cost of the internet in Uganda is a hindrance to online learning.", "luganda": "Olw'okuba yintaneeti ya bbeeyi mu Uganda kiremesa okusoma okw'oku mukutu gwa yintaneeti." }, { "english": "Education is very important in the modern day world.", "luganda": "Okusoma kintu kikulu nnyo mu nsi ey'akakyo kano." }, { "english": "In the past women were not allowed to go to school.", "luganda": "Mu biseera eby'edda abakyala tebaakkirizibwanga kugenda ku ssomero." }, { "english": "The coronavirus updates were published in today's newspapers.", "luganda": "Ebipya ebikwata ku kirwadde kya korona bifulumidde mu mpapula z'amawulire eza leero." }, { "english": "The minister of Education made a report about the general performance of candidates.", "luganda": "Minisita w'eby'enjigiriza yawadde alipoota ekwata ku ngeri abayizi ab'ekibiina eky'akamalirizo gye baakolamu okutwalira awamu." }, { "english": "The prevalence of coronavirus has increased the income inequality gap among Ugandans.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kyongedde okugaziya omuwatwa mu by'enfuna bya Bannayuganda." }, { "english": "What has hindered development in some parts of the country?", "luganda": "Kiki ekiremesezza enkulaakulana mu bitundu by'eggwanga ebimu?" }, { "english": "The president gave updates on the status of coronavirus during his speech.", "luganda": "Pulezidenti alina ebipya bye yayogera ebikwata ku kirwadde kya korona." }, { "english": "Technology has encouraged continuity of learning during this pandemic season.", "luganda": "Tekinologiya asobozesezza okusoma okugenda mu maaso mu kiseera kino eky'ekirwadde." }, { "english": "Radios and televisions are a means of communication.", "luganda": "Leediyo ne ttivi bikozesebwa mu by'empuliziganya." }, { "english": "Some learners do not have learning aids to support them through the lockdown.", "luganda": "Abayizi abamu tebalina bya kukozesa nga basoma mu kiseera kino eky'omuggao." }, { "english": "Was it necessary to close schools back in March two thousand twenty?", "luganda": "Kyali kyetaagisa okuggala amasomero mu mwezi ogw'okusatu mu mwaka enkumi bbiri mu abiri?" }, { "english": "What are some of the materials required for electronic learning?", "luganda": "Ebimu ku bintu ebyetaagisibwa mu kusoma okw'oku mukutu bye biruwa?" }, { "english": "Radio and television stations have aided learning during this pandemic season.", "luganda": "Leediyo ne ttivi biyambye nnyo mu kusoma mu kiseera kino eky'ekirwadde." }, { "english": "In February two thousand twenty one schools were reopened for semi candidates.", "luganda": "Mu mwezi gw'okubiri mu mwaka enkumi bbiri mu abiri mu gumu amasomero gaaggulwawo eri abo abaali mu bibiina ebiddirira eby'akamalirizo." }, { "english": "What are the functions of the high court in Uganda?", "luganda": "Kkooti enkulu mu Uganda erina mulimu ki?" }, { "english": "Most government projects are for the benefit of the public.", "luganda": "Pulojeekiti za gavumenti ezisinga obungi zaakuganyula bantu bonna." }, { "english": "Who is the newly appointed Attorney General of Uganda?", "luganda": "Ani ssabawolereza omupya owa Uganda?" }, { "english": "What were the objectives of the Rural Electrification project in Uganda?", "luganda": "Bigendererwa ki ebyali mu nteekateeka y'okubunyisa amasanyalaze mu byalo mu Uganda?" }, { "english": "Her work license was officially canceled.", "luganda": "Layisinsi ye ey'omulimu yasazibwamu." }, { "english": "The main purpose of the judiciary is to administer justice to all people in Uganda.", "luganda": "Ekigendererwa ekikulu eky'ekitongole ekiramuzi kwe kuleetera abantu bonna mu Uganda okufuna obwenkanya." }, { "english": "What is the role of a minister in government?", "luganda": "Minisita mu gavumenti aba na mulimu ki?" }, { "english": "Companies like to hire competent people with expertise in their field of study.", "luganda": "Amakampuni gaagala okukozesa abantu abalina obusobozi n'obukugu mu bye baasomerera." }, { "english": "There is a body that regulates and controls engineering practices in Uganda.", "luganda": "Waliwo ekibiina ekiwa obulagirizi era ekirungaamya ba yinginiya mu Uganda." }, { "english": "Under what conditions may an employee be laid off from work?", "luganda": "Kiki ekiyinza okuviirako omukozi okusalibwako ku mulimu?" }, { "english": "Scientists have contributed to the World's technological advancement.", "luganda": "Bannasayansi balina kye bakoze mu by'enkulaakulana ya tekinologiya mu nsi yonna." }, { "english": "He installed various applications on his phone.", "luganda": "Yateeka appu ezitali zimu ku ssimu ye." }, { "english": "What is the role of the Archbishop of Uganda?", "luganda": "Ssabalabirizi wa Uganda alina mulimu ki?" }, { "english": "He wanted to know more about salvation.", "luganda": "Yayagala okumanya ebisingawo ebikwata ku bulokozi." }, { "english": "What does it take to get to the level of an Archbishop?", "luganda": "Kyetaagisa ki okutuuka ku ddaala lya ssababalabirizi?" }, { "english": "Archbishops retire at the age of sixty five years.", "luganda": "Ba ssabalabirizi bawummulira ku myaka nkaaga mu etaano egy'obukulu." }, { "english": "There are both Catholic and Anglican Archbishops.", "luganda": "Waliwo ba ssabalabirizi Abakatoliki n'ab'Angirikaani." }, { "english": "How many Catholic dioceses are in Uganda?", "luganda": "Dayosisi mmeka ez'Abakatoliki eziri mu Uganda?" }, { "english": "It has been reported that appointed ministers do not want to attend parliament sittings.", "luganda": "Kigambibwa nti baminisita abalonde tebaagala kubaawo mu ntuula za palamenti." }, { "english": "Is a high body temperature a sign of fever?", "luganda": "Omubiri bwe gubaamu ebbugumu lingi kaba kabonero k'omusujja?" }, { "english": "Can stomach ulcers be treated?", "luganda": "Amabwa g'omu lubuto gasobola okujjanjabibwa?" }, { "english": "He died of an unknown illness.", "luganda": "Yafa obulwadde obutamanyiddwa." }, { "english": "Lawyers offer legal advice to their clients.", "luganda": "Bannamateeka bawa amagezi abo be bakolera." }, { "english": "What laws are in place to fight against sexual harassment?", "luganda": "Mateeka ki agaassibwawo okulwanyisa obuliisamaanyi?" }, { "english": "I think women should be sensitized on ways they can protect themselves against sexual abuse.", "luganda": "Nze ndowooza nti abakyala balina okusomesebwa ku ngeri gye bayinza okwekuumamu okutyoboolebwa mu by'okwegatta." }, { "english": "Some employers exploitatively do not pay their employees’ wages and salaries.", "luganda": "Abakozesa abamu tebasasula bakozi baabwe misaala." }, { "english": "There are very many victims of rape in Uganda.", "luganda": "Mu Uganda mulimu abantu bangi abakakibwa mu by'okwegatta." }, { "english": "Victims of domestic violence need to be offered free counseling services.", "luganda": "Abo ababa bayise mu mbeera ey'obusambattuko mu maka balina okuweebwa okubuulirira ku bwereere." }, { "english": "It is a common trend for criminals to deny offenses charged on them.", "luganda": "Kya bulijjo abazzi b'emisango okwegaana emisango egiba gibavunaanibwa." }, { "english": "Communities need to be sensitized about the prevailing human rights.", "luganda": "Abantu balina okusomesebwa ku bikwata ku ddembe ly'obuntu eririwo." }, { "english": "She wrote a letter to her longtime friend.", "luganda": "Yawandiikira mukwano gwe ow'edda ebbaluwa." }, { "english": "Of what benefit is the human rights committee in the country?", "luganda": "Akakiiko k'eddembe ly'obuntu mu ggwanga kalina mugaso ki?" }, { "english": "She plans to attend today's meeting.", "luganda": "Ateekateeka kubaawo mu lukungaana lwa leero." }, { "english": "He was sanctioned with a letter inviting him to court.", "luganda": "Yaweebwa ebbaluwa emuyita mu kkooti." }, { "english": "Some people do not know how to write official letters.", "luganda": "Abantu abamu tebamanyi ngeri ya kuwandiikamu ebbaluwa entongole." }, { "english": "The number of coronavirus infections has globally declined.", "luganda": "Omuwendo gw'abakwatibwa ekirwadde kya korona mu nsi yonna gukendedde." }, { "english": "What countries share a border with Uganda?", "luganda": "Nsi ki ezigabana ensalo ne Uganda?" }, { "english": "There are quite a number of Ugandans living and working in South Africa", "luganda": "Waliwo Bannayuganda bangi ababeera mu South Afirika era nga bakolerayo." }, { "english": "How many people have died of coronavirus in the world?", "luganda": "Bantu bameka abafudde ekirwadde kya korona mu nsi yonna?" }, { "english": "Coronavirus infections were most common in urban areas.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kyasinga kuba mu bitundu by'omu bibuga." }, { "english": "What are the signs of mental stress?", "luganda": "Bubonero ki obulaga nti omuntu mwenyamivu?" }, { "english": "Coronavirus was common among older people than the youth.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kyali nnyo mu bantu abakuze mu myaka okusinga mu bavubuka." }, { "english": "Some Ugandan soldiers were taken to Somalia to fight against the rebels.", "luganda": "Amaggye ga Uganda agamu gaatwalibwa e Somalia okulwanyisa abayeekera." }, { "english": "Earlier people were not allowed to attend the burial of a coronavirus victim.", "luganda": "Mu kusooka abantu tebaakkirizibwanga kubaawo mu kuziika abo abaabanga bafudde ekirwadde kya korona." }, { "english": "Photographs remind us of different memories.", "luganda": "Ebifaananyi bitujjukiza ebintu eby'enjawulo." }, { "english": "What protective gears must doctors wear before working on a coronavirus patient?", "luganda": "Bintu ki eby'okwekuumisa abasawo bye balina okwambala nga tebannatandika kukola ku mulwadde w'ekirwadde kya korona?" }, { "english": "Some hospitals need to be renovated because they are very old.", "luganda": "Amalwaliro agamu galina okudaabirizibwa kubanga gakaddiye nnyo." }, { "english": "He holds the highest rank in the army.", "luganda": "Alina ekitiibwa ekisingayo okuba ekya waggulu mu maggye." }, { "english": "Some soldiers retired from the army this year.", "luganda": "Ab'amaggye abamu baawummula amaggye omwaka guno." }, { "english": "Some health workers are very rude to their patients.", "luganda": "Abasawo abamu bakambwalira nnyo abalwadde baabwe." }, { "english": "What are some of the challenges faced by the health sector in Uganda?", "luganda": "Okumu ku kusoomooza okwolekedde ekitongole ky'eby'obulamu mu Uganda kwe kuluwa?" }, { "english": "Several people are arrested whenever there is a strike.", "luganda": "Abantu bangi bakwatibwa buli lwe wabaawo okwekalakaasa." }, { "english": "Couples are encouraged to use family planning methods as a way of controlling population growth.", "luganda": "Abafumbo bakubirizibwa okukozesa enkola ez'ekizaalagumba okusobola okutangira abantu okuba abangi ennyo." }, { "english": "Uganda medical interns threatened to strike over underpayments.", "luganda": "Abasawo mu Uganda abali mu kwegezaamu baatiisatiisa okwekalakaasa olw'omusaala omutono ogubaweebwa." }, { "english": "Umbrellas are useful on a rainy day.", "luganda": "Manvuuli ziba za mugaso ng'enkuba ettonya." }, { "english": "New plant species have been introduced on market.", "luganda": "Waliwo ekikka ekipya eky'ebimera ekireeteddwa ku katale." }, { "english": "What are some of the challenges facing the health sector of Uganda?", "luganda": "Okumu ku kusoomooza ekitongole ky'eby'obulamu kwe kyolekaganye nakwo mu Uganda kwe kuluwa?" }, { "english": "Some Non-Government Organizations have been suspended in Uganda.", "luganda": "Ebibiina ebimu eby'obwannakyewa biyimiriziddwa mu Uganda." }, { "english": "Security forces need to execute their duties with due diligence.", "luganda": "Ab'eby'okwerinda balina okukola emirimu gyabwe n'obunyiikivu." }, { "english": "How has curfew helped in controlling the spread of coronavirus?", "luganda": "Kafiyu ayambye atya mu kutangira okusaasaana kw'ekirwadde kya korona?" }, { "english": "Isolate yourself in case you have any symptoms of coronavirus.", "luganda": "Weeyawule ku balala bw'oba olina obubonero bwonna obw'ekirwadde kya korona." }, { "english": "The Ministry of Health has tried to control the spread of coronavirus in Uganda.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulamu kigezezaako okutangira okusaasaana kw'ekirwadde kya korona mu Uganda." }, { "english": "Some qualified health workers in Uganda do not have jobs.", "luganda": "Abasawo abamu mu Uganda abalina ebisaanyizo tebalina mirimu." }, { "english": "Developed countries have good medical facilities.", "luganda": "Ensi ezaakula edda zirina amalwaliro amalungi." }, { "english": "I am certain doctors learned a lot during this pandemic.", "luganda": "Nkikakasa nti abasawo bayize bingi mu kiseera kino eky'ekirwadde." }, { "english": "Countries have discovered various vaccines that can be used to fight against coronavirus.", "luganda": "Ensi zizuudde eddagala aritali limu erisobola okukozesebwa okulwanyisa ekirwadde kya korona." }, { "english": "Why was artificial oxygen used in treating coronavirus?", "luganda": "Lwaki omukka gwa okisijeeni omukolerere gwakozesebwa mu kujjanjaba abalwadde b'ekirwadde kya korona?" }, { "english": "Medical surgeries are carried out from the operating theater.", "luganda": "Okulongosebwa okw'ekisawo kukolebwa mu sweeta." }, { "english": "Coronavirus can cause lung complications.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kisobola okutaataaganya amawugwe." }, { "english": "Government authorities should address the needs of the general public.", "luganda": "Abakungu ba gavumenti balina okukola ku byetaago by'abantu bonna." }, { "english": "Uganda received financial aid to assist her in fighting against coronavirus.", "luganda": "Uganda yafuna obuyambi bw'ensimbi okusobola okugiyambako okulwanyisa ekirwadde kya korona." }, { "english": "All government authorities and organizations have a permanent secretary.", "luganda": "Gavumeni zonna n'ebibiina birina abawandiisi ab'enkalakalira." }, { "english": "What would you do if someone makes false accusations against you?", "luganda": "Wandikoze ki singa wabaawo akuwaayiriza?" }, { "english": "Truck drivers were some of the first coronavirus victims in Uganda.", "luganda": "Abavuzi b'ebimotoka ebinene be bamu ku abo abaasooka okukwatibwa ekirwadde kya korona mu Uganda." }, { "english": "The coronavirus vaccine is given on the left arm.", "luganda": "Eddagala erigema ekirwadde kya korona likubibwa ku mukono ogwa kkono." }, { "english": "God is so merciful.", "luganda": "Katonda wa kisa nnyo." }, { "english": "President promised to increase the salaries of medical doctors.", "luganda": "Pulezidenti yasuubiza okwongeza omusaala gw'abasawo." }, { "english": "His work contract is for four years.", "luganda": "Kontulakita ye ey'omulimu ya myaka ena." }, { "english": "The government wants to have all Ugandans vaccinated.", "luganda": "Gavementi eyagala Bannayuganda bonna bagemebwe." }, { "english": "Most employees' salaries were reduced because of the pandemic.", "luganda": "Omusaala gw'abakozi abasinga obungi gwakendeezebwako olw'ekirwadde." }, { "english": "A bigger percentage of Ugandans are Christians.", "luganda": "Bannayuganda abasinga obungi bakristaayo." }, { "english": "The government called for the first lockdown in March two thousand twenty.", "luganda": "Gavumenti yassaawo omuggalo ogwasooka mu mwezi gw'okusatu mu nkumi bbiri mu abiri." }, { "english": "How was your first experience at work?", "luganda": "Biki bye wasooka okuyitamu ku mulimu?" }, { "english": "Who is in charge of appointing Archbishops?", "luganda": "Ani alina obuvunaanyizibwa bw'okulonda bassaabalabirizi?" }, { "english": "Very many things have changed as a result of the pandemic.", "luganda": "Ebintu bingi bikyuse nnyo olw'ekirwadde." }, { "english": "Some people believe that coronavirus is here to stay.", "luganda": "Abantu abamu balowooza nti ekirwadde kya korona tekijja kuvaawo." }, { "english": "It is good to have a positive mindset.", "luganda": "Kiba kirungi okuba n'endowooza ennungaamu." }, { "english": "Our bodies are the temple of God.", "luganda": "Emibiri gyaffe ye yeekaalu ya Katonda." }, { "english": "What criteria is followed when appointing new Archbishops of Uganda?", "luganda": "Nkola ki egobererwa mu kulonda bassaabalabirizi abapya mu Uganda?" }, { "english": "I have also found working with media houses useful especially newspapers.", "luganda": "Nnange nkirabye nti kya muganyulo okukola ne bannamawulire nnaddala empapula z'amawulire." }, { "english": "The closure of churches gave some people time to reflect on their spiritual lives.", "luganda": "Okuggalawo amakanisa kyawa abantu abamu akadde okufumiitiriza ku mbeera yaabwe ey'eby'omwoyo." }, { "english": "What are the benefits of going to church?", "luganda": "Muganyulo ki oguli mu kugenda mu kkanisa?" }, { "english": "Pastors priests and bishops have used media platforms to preach the gospel.", "luganda": "Abasumba ababuulizi ne ba bisoopu bakozesezza emikutu gy'eby'empuliziganya egitali gimu okubuulira enjiri." }, { "english": "Social media is one of the channels used to spread the gospel of God.", "luganda": "Emikuttu emigattabantu gye gimu ku makubo agakozesebwa okubunyisa enjiri ya Katonda." }, { "english": "I read my Bible every day.", "luganda": "Bayibuli yange ngisoma buli lunaku." }, { "english": "Projects have a life span.", "luganda": "Pulojeekiti zibaako ekkomo." }, { "english": "What are some of the challenges faced by journalists in Uganda?", "luganda": "Okumu ku kusoomooza bannamawulire kwe boolekaganye nakwo mu Uganda kwe kuluwa?" }, { "english": "What is the main purpose of preaching the gospel?", "luganda": "Ekigendererwa ekikulu eky'okubuulira enjiri kye kiruwa?" }, { "english": "There are people that have converted from witchcraft to Christianity.", "luganda": "Waliwo abantu abavudde mu busamize ne badda mu bukristaayo." }, { "english": "Your mindset can influence your character.", "luganda": "Endowooza gy'olina ekuleetera okubaako engeri gye weeyisaamu." }, { "english": "How has the pandemic affected the churches?", "luganda": "Ekirwadde kikosezza kitya amakanisa?" }, { "english": "On Sundays I watch ongoing television programs.", "luganda": "Ku Sande ndaba pulogulaamu eziba ku ttivi." }, { "english": "We believe that churches shall be reopened after the sixty days.", "luganda": "Tusuubira nti amakanisa gajja kuddamu okuggulwawo oluvannyuma lw'ennaku enkaaga." }, { "english": "People give tithe and offerings when they go to church.", "luganda": "Abantu baawaayo ekimu eky'ekkumi n'ebiweebwayo bwe bagenda mu kkanisa." }, { "english": "We need to put idle resources to active usage.", "luganda": "Tulina okukozesa ebintu ebiri awo nga tebikozesebwa." }, { "english": "No one knows when the pandemic will completely end.", "luganda": "Tewali n'omu amanyi ddi ekirwadde lwe kinnaakomera ddala." }, { "english": "Most of our problems are temporal.", "luganda": "Ebizibu byaffe ebisinga obungi bya kaseera buseera." }, { "english": "God is so loving and forgiving.", "luganda": "Katonda alina okwagala kungi nnyo era asonyiwa." }, { "english": "I cannot speak bad things about myself.", "luganda": "Ssisobola kweyogerako bintu bibi." }, { "english": "We learned through the hardships of life.", "luganda": "Twayiga okuyitira mu bizibu eby'amaanyi bye twafuna mu bulamu." }, { "english": "God is the creator of the universe.", "luganda": "Katonda ye mutonzi w'ensi yonna." }, { "english": "She came from a humble background.", "luganda": "Yava mu maka maavu." }, { "english": "Why were airports closed during the pandemic?", "luganda": "Lwaki ebisaawe by'ennyonyi byaggalwawo mu kiseera ky'ekirwadde?" }, { "english": "Hopefully things will finally get better.", "luganda": "Kisuubirwa nti ebintu bijja kumala birongooke." }, { "english": "When we repent God forgives our sins.", "luganda": "Bwe twennenya Katonda atusonyiwa ebibi byaffe." }, { "english": "How many books are in the Bible?", "luganda": "Bitabo bimeka ebiri mu Bayibuli?" }, { "english": "God hears our prayers and sees all that we do.", "luganda": "Katonda awulira okusaba kwaffe era alaba byonna bye tukola." }, { "english": "The scriptures talk a lot about the nature of God.", "luganda": "Ebyawandiikibwa byogera nnyo ku ngeri ya Katonda." }, { "english": "Some people do not have a source of income.", "luganda": "Abantu abamu tebalina we baggya bya nyingiza." }, { "english": "Through his preaching the priest advised believers to trust God.", "luganda": "Okuyitira mu kubuulira kwe bisoopu yawa amagezi abakkiriza okwesiga Katonda." }, { "english": "Projects like poultry and piggery are a source of income to many.", "luganda": "Pulojeekiti ng'ey'okulunda enkoko n'embizzi bye bimu ku bintu abamu mwe baggya ennyingiza." }, { "english": "Winners exercise certain traits that cause them to win.", "luganda": "Abawanguzi waliwo engeri ze baba nazo ezibasobozesa okuwangula." }, { "english": "Religious leaders were requested to keep out of politics.", "luganda": "Abakulembeze b'amadiini baasabibwa obuteenyigira mu bya bufuzi." }, { "english": "Who is a vulnerable person?", "luganda": "Muntu ki ateesobola?" }, { "english": "The government gave posho and beans to people during the first lockdown in two thousand twenty.", "luganda": "Gavumenti yawa abantu akawunga n'ebijjanjaalo mu kiseera ky'omuggalo ogwasooka mu nkumi bbiri abiri." }, { "english": "The police moved around in town centers encouraging people to wear masks.", "luganda": "Poliisi yagenda etambula mu sitenseni ezitali zimu ng'ekubiriza abantu okwambala masiki." }, { "english": "The government of Uganda has done its best to control the spread of coronavirus in the country.", "luganda": "Gavumenti ya Uganda ekoze ky'esobola okutangira okusaasaana kw'ekirwadde kya korona mu ggwanga." }, { "english": "The Ministry of Health anticipates that there might be a third wave of coronavirus.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulamu kisuubira nti wayinza okubaawo ekitundu eky'okusatu eky'ekirwadde kya korona." }, { "english": "The lockdown was lifted in phases.", "luganda": "Omuggalo gwaggibwawo mu mitendera." }, { "english": "The government promised to distribute masks.", "luganda": "Gavumenti yasuubiza okugaba masiki." }, { "english": "The doctor said that the woman is perfectly healthy.", "luganda": "Dokita yagamba nti omukazi mulamu bulungi." }, { "english": "The public donated food and money to the government during the first lockdown.", "luganda": "Abantu baawaayo emmere ne ssente eri gavumenti mu kiseera ky'omuggalo ogwasooka." }, { "english": "Some people did not have anything to eat during the lockdown.", "luganda": "Abantu abamu tebaalina kya kulya kyonna mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "Individuals came out to distribute food to the needy in society.", "luganda": "Abantu kinnoomu baavaayo ne bagabira abantu emmere." }, { "english": "I did not see him at the burial.", "luganda": "Ssaamulaba mu kuziika." }, { "english": "We believe everything is possible before God.", "luganda": "Tusuubira nti buli kimu kisoboka eri Katonda." }, { "english": "There are very many needy people in society.", "luganda": "Waliwo abantu abaavu bangi." }, { "english": "He has very many rich friends.", "luganda": "Alina emikwano mingi nnyo emigagga." }, { "english": "People have made international friends via social media.", "luganda": "Abantu bakoze emikwano mu nsi yonna okuyitira ku mikuttu emigattabantu." }, { "english": "Christians preach about the good news of Jesus Christ.", "luganda": "Abakristaayo babuulira amawulire amalungi agakwata ku Yesu Kristo." }, { "english": "Her mother is in the church choir.", "luganda": "Maama we ali mu kwaaya y'ekkanisa." }, { "english": "Some fathers do not want to take part in the upbringing of their children.", "luganda": "Ba taata abamu tebaagala kwenyigira mu kukuza baana baabwe." }, { "english": "Some churches do not have permanent structures.", "luganda": "Amakanisa agamu tegalina bizimbe bya nkalakalira." }, { "english": "He will represent the university in the competitions.", "luganda": "Ajja kukiikirira yunivasite mu kuvuganya." }, { "english": "We believe that people from a royal family are rich.", "luganda": "Tulowooza nti abantu abava mu kikka ekirangira bagagga." }, { "english": "The church of Uganda has its own assets.", "luganda": "Ekkanisa ya Uganda erina ebintu byaayo." }, { "english": "Village leaders should know their residents.", "luganda": "Abakulembeze b'ebyalo balina okumanya abantu abali mu kyalo kyabwe." }, { "english": "The court ruling is final.", "luganda": "Kkooti ky'esazeewo kya nkomeredde." }, { "english": "When some people die their property is presided over by their relatives.", "luganda": "Abantu abamu bwe bafa ebintu byabwe birabirirwa ab'enganda zaabwe." }, { "english": "There are various land cases in the courts of law.", "luganda": "Waliwo emisango egitali gimu egy'ettaka mu kkoota z'amateeka." }, { "english": "Judges make their ruling based on the evidence provided.", "luganda": "Abalamuzi bawa ensala yaabwe okusinziira ku bujulizi obuba buleeteddwa." }, { "english": "Why do some court cases take so long?", "luganda": "Lwaki emisango egimu girwawo nnyo mu kkooti?" }, { "english": "The Catholic Archbishop died this year.", "luganda": "Ssabalabirizi w'Abakatoliki yafa omwaka guno." }, { "english": "What are the different ways of acquiring land in Uganda?", "luganda": "Engeri ez'enjawulo ez'okufunamu ettaka mu Uganda ze ziruwa?" }, { "english": "Most lawyers usually end up joining politics.", "luganda": "Bannamateeka abasinga obungi bakommekereza bayingidde eby'obufuzi." }, { "english": "On purchase of certain products clients are given a warranty.", "luganda": "Abantu bwe bagula ebintu ebimu baweebwa walanti." }, { "english": "He is a successful businessman.", "luganda": "Musajja munnabyabusuubuzi mukukkutivu." }, { "english": "One of the churches was demolished as a result of land wrangles.", "luganda": "Emu ku kkanisa yamenyebwa olw'enkayaana z'ettaka." }, { "english": "Lawyers act on behalf of the client while in courts of law.", "luganda": "Bannamateeka bwe babeera mu kkooti bakola ku lw'oyo gwe baba bawolereza." }, { "english": "How can one tell the validity of something?", "luganda": "Omuntu asobola atya okumanya obutuufu bw'ekintu?" }, { "english": "He is a person of high status in society.", "luganda": "Muntu wa kitiibwa nnyo mu kitundu." }, { "english": "The judge is expected to make biased free decisions.", "luganda": "Omulamuzi asuubirwa okusalawo nga teyeekubidde." }, { "english": "Court helps solve society disputes.", "luganda": "Kkooti eyamba mu kugonjoola enkayaana mu kitundu." }, { "english": "Incompetence is evaluated according to performance.", "luganda": "Obutaba na bumanyirivu kyeyolekera mu bikolebwa." }, { "english": "How does one become a judge?", "luganda": "Omuntu afuuka atya omulamuzi?" }, { "english": "The courts of law provide justice to the public.", "luganda": "Kkooti z'amateeka ziwa abantu obwenkanya." }, { "english": "There are no permanent structures on his piece of land.", "luganda": "Ku ttaka lye tekuliiko bizimbe bya nkalakalira." }, { "english": "His phone has a one-year warranty.", "luganda": "Essimu ye eriko walanti ya mwaka gumu." }, { "english": "Both the Catholic and Anglican churches have dioceses in Uganda.", "luganda": "Ekkereziya y'Abakatoliki n'ekkanisa ya Abangilikani byombi birina dayosisi mu Uganda." }, { "english": "The old man enjoyed the fruits of his hard work.", "luganda": "Omusajja omukadde yanyumirwa ebibala eby'okufuba kwe." }, { "english": "According to the judge his evidence was insufficient.", "luganda": "Okusinziira ku mulamuzi obujulizi bwe bwali tebumala." }, { "english": "The investigations were very costly.", "luganda": "Okunoonyereza kwatwala ssente nnyingi nnyo." }, { "english": "The registered candidates sat for their national examinations.", "luganda": "Abaali mu bibiina eby'akamalirizo abeewandiisa baatuula ebigezo byabwe eby'eggwanga lyonna." }, { "english": "The judge's decision did not please him.", "luganda": "Okusalawo kw'omulamuzi tekwamusanyusa." }, { "english": "What role is played by the Anti-Corruption Unit in Uganda?", "luganda": "Ekitongole ekirwanyisa obuli bw'enguzi mu Uganda kirina mulimu ki?" }, { "english": "The stealing of newly born babies from hospitals is on the rise these days.", "luganda": "Okubba abaana abaakazaalibwa mu malwaliro kugenda kweyongerayongera ennaku zino." }, { "english": "Pastors lead believers of the born-again faith.", "luganda": "Abasumba be bakulembera abakkiriza mu nzikkiriza y'abalokole." }, { "english": "She does not know her real parents.", "luganda": "Tamanyi bazadde bennyini." }, { "english": "There were very many mourners at the burial.", "luganda": "Mu kuziika abakungubazi baali bangi nnyo." }, { "english": "Security in hospitals should be tightened.", "luganda": "Eby'okwerinda birina okunywezebwa mu malwaliro." }, { "english": "The increasing number of murder cases need to be investigated.", "luganda": "Ettemu erigenda lyeyongerayongera lirina okunoonyerezebwako." }, { "english": "How can we stop corruption in the county?", "luganda": "Tuyinza tutya okukomya obuli bw'enguzi mu ggwanga?" }, { "english": "She took photographs of her baby with the phone.", "luganda": "Yakozesa essimu okukuba ebifaananyi by'omwana we omuwere." }, { "english": "Through investigations the truth eventually comes out.", "luganda": "Okuyitira mu kunoonyereza amazima gamala ne gavaayo." }, { "english": "The police case was closed.", "luganda": "Omusango gwa poliisi gwaggalwawo." }, { "english": "Abortion is illegal in Uganda.", "luganda": "Kimenya mateeka okuggyamu embuto mu Uganda." }, { "english": "Having high expectations can lead to disappointments.", "luganda": "Bw'osuubira ennyo ekintu kiyinza okukuviirako okuggwaamu amaanyi." }, { "english": "Who heads the Uganda Police?", "luganda": "Ani akulira poliisi ya Uganda?" }, { "english": "The housemaid was caught on camera torturing her boss' child.", "luganda": "Kamera yakwata omukozi w'awaka ng'atulugunya omwana wa mukama we." }, { "english": "I have been wondering where to go for my vacation.", "luganda": "Mbadde nneebuuza aw'okulaga mu luwummula lwange." }, { "english": "Her baby went missing in the hospital.", "luganda": "Omwana we omuwere yabulira mu ddwaliro." }, { "english": "He was summoned by the anti-corruption unit for further investigations.", "luganda": "Ekitongole ekikola ku kutangira obuli bw'enguzi kyamuyita okwongera okumunoonyerezaako." }, { "english": "The police interrogated the criminal but did not get any relevant information.", "luganda": "Poliisi yasoya omuzzi w'emisango ebibuuzo naye tewali kituufu kyafunibwa." }, { "english": "The spokesperson of police addressed the press yesterday evening.", "luganda": "Omwogezi wa poliisi yayogedde eri bannamawulire jjo akawungeezi." }, { "english": "He has been a practicing doctor for over twenty years now.", "luganda": "Abadde akola nga dokita okumala emyaka egisukka mu amakumi abiri." }, { "english": "He took his children for a Deoxyribonucleic Acid test.", "luganda": "Yatwala abaana be okubakebera endaga butonde." }, { "english": "What kind of offenses are handled by the court?", "luganda": "Misango gya ngeri ki egirina okukolebwako kkooti?" }, { "english": "Failure to comply with a court order is an offense.", "luganda": "Bw'olemererwa okukolera ku biragiro bya kkooti guba musango." }, { "english": "The police spokesperson updates the public on certain current security issues.", "luganda": "Omwogezi wa poliisi ategeeza abantu ensonga z'eby'okwerinda ezibaawo mu kiseera ekyo." }, { "english": "I will visit the dentist next week.", "luganda": "Nja kugenda okulaba omusawo w'amannyo wiiki ejja." }, { "english": "Some drivers for public vehicles do not have driving permits.", "luganda": "Abavuzi bw'emmotoka abamu abavuga emmotoka eza lukale tebalina bisaanyizo bibakkiriza kuvuga mmotoka." }, { "english": "The health facilities are open twenty four hours.", "luganda": "Amalwaliro gaba maggule okumala essaawa abiri mu nya." }, { "english": "When can re-election take place in Uganda?", "luganda": "Ddi okulonda lwe kuyinza okuddibwamu mu Uganda?" }, { "english": "Very many youths in Uganda believed in the ideology of people power.", "luganda": "Abavubuka bangi mu Uganda bakkiririza mu ndowooza y'amaanyi g'abantu." }, { "english": "Every political candidate had a symbol on the ballot paper.", "luganda": "Buli munnabyabufuzi eyeesimbawo yalina akabonero ke ku kalulu." }, { "english": "How long is the president's term in the United States?", "luganda": "Mu America ekisanja kya pulezidenti kiba kya myaka emmeka?" }, { "english": "Facebook has enforced its rules barring content promoting harm.", "luganda": "Facebook ennywezezza amateeka gaayo era tekkiriza kintu kyonna ekitumbula ekikolwa eky'omutawaana." }, { "english": "What is the purpose of holding elections?", "luganda": "Lwaki okulonda kubaawo?" }, { "english": "How many votes did he get in the East African parliament elections?", "luganda": "Yafuna obululu bumeka mu kulonda kw'ababaka mu palamenti ya East Africa?" }, { "english": "Uganda is a member of the United Nations.", "luganda": "Uganda memba mu kibiina ky'amawanga amagatte." }, { "english": "He got the majority votes but he was not announced as the winner.", "luganda": "Ye yafuna obululu obusinga obungi naye teyalangirirwa ng'omuwanguzi." }, { "english": "He was appointed manager replacing her when she was on leave.", "luganda": "Yalondebwa okuba maneja n'amuddira mu bigere bwe yali mu luwummula." }, { "english": "She seats on the school board of directors.", "luganda": "Atuula ku kakiiko k'esomero aka badayirekita." }, { "english": "Uganda imports most of its products from Kenya.", "luganda": "Uganda ebintu byaayo ebisinga obungi ebiggya Kenya." }, { "english": "The new employees in the company introduced themselves to the old team.", "luganda": "Abakozi abapya mu kampuni beeyanjula eri abakadde." }, { "english": "Why did Britain break away from the European Union?", "luganda": "Lwaki Bungereza yava mu mukago gwa Bulaaya?" }, { "english": "He dismantled the phone in order to repair it.", "luganda": "Yataggulula essimu asobole okugidaabiriza." }, { "english": "Good roads contribute to economic development.", "luganda": "Amakubo amalungi gatumbula eby'enkulaakulana." }, { "english": "The museum is one of Uganda's tourist sites.", "luganda": "Etterekero ly'ebintu eby'edda kye kimu ku bintu abalambuzi bye balambula mu Uganda." }, { "english": "Uganda is endowed with historical monuments like the independence monuments.", "luganda": "Uganda erimu ebijjukizo bingi gamba nga ekijjukizo ky'ammefuga." }, { "english": "What do you know about Uganda's history?", "luganda": "Kiki ky'omanyi ku byafaayo bya Uganda?" }, { "english": "Why were monuments built in the past?", "luganda": "Lwaki edda ebijjukizo byazimbibwanga?" }, { "english": "Uganda was colonized by Britain.", "luganda": "Uganda yali ttwale lya Bungereza." }, { "english": "The Queen of England first visited Uganda in one thousand nine hundred fifty four.", "luganda": "Nnabakyala wa Bungereza yasooka kukyalira Uganda mu lukumi mu lwenda ataano mu ena." }, { "english": "Our school is under renovation.", "luganda": "Essomero lyaffe lidaabirizibwa." }, { "english": "More petrol stations have been opened up on different roads in Uganda.", "luganda": "Amasundiro g'amafuta mangi gagguddwawo ku makubo agatali gamu mu Uganda." }, { "english": "The Queen of England came to Uganda in two thousand seven to attend the commonwealth.", "luganda": "Nnabakyala wa Bungereza yajja mu Uganda mu nkumi bbiri mu musanvu okubaawo mu lukungaana lw'amawanga agaliko amatwale ga Bungereza." }, { "english": "Some buildings that were built without a plan in Kampala are being demolished.", "luganda": "Ebizimbe ebimu mu Kampala ebitazimbibwa ku pulaani bimenyebwa." }, { "english": "What causes traffic jam in the downtown of Kampala city?", "luganda": "Kiki ekiviirako akalipagano k'ebidduka mu kibuga Kampala?" }, { "english": "The clock tower is not there anymore.", "luganda": "Essaawa ya kwiini tekyaliwo." }, { "english": "Some places in Kampala city flood when it rains heavily.", "luganda": "Enkuba bw'ettonnya ennyo ebitundu ebimu mu Kampala byanjaala amazzi." }, { "english": "Some of the causes of fire outbreaks still remain unknown in Uganda.", "luganda": "Ebimu ku biviirako omuliro mu Uganda tebinnamanyika." }, { "english": "What is the main function of the brain?", "luganda": "Omulimu omukulu ogw'obwongo gwe guluwa?" }, { "english": "She shared her story on how she recovered from coronavirus.", "luganda": "Yategeeza abalala engeri gye yawonamu ekirwadde kya korona." }, { "english": "How many coronavirus vaccination centres are available in the country?", "luganda": "Mu ggwanga mulimu ebifo bimeka we bagemera ekirwadde kya korona?" }, { "english": "The number of coronavirus cases has reduced in the country.", "luganda": "Omuwendo gw'abantu abakwatibwa ekirwadde kya korona mu ggwanga gukendedde." }, { "english": "During the lockdown priority was given to treatment of coronavirus patients.", "luganda": "Mu kiseera ky'omuggalo okujjanjaba abalwadde b'ekirwadde kya korona kyasoosowazibwa." }, { "english": "Due to full capacity in the hospitals coronavirus patients with mild symptoms were told to treat themselves from home.", "luganda": "Olw'okuba amalwaliro gaali gakubyeeko abalwadde b'ekirwadde kya korona abataali mu mbeera mbi nnyo baagambibwa okwejjanjabira awaka." }, { "english": "New coronavirus centres were put in place to reduce the congestion in hospitals.", "luganda": "Ebifo ebirala awajjanjabirwa ekirwadde kya korona byassibwawo okusobola okukendeeza ku mujjuzo mu malwaliro." }, { "english": "Coronavirus originated from China in two thousand nineteen.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kyatandikira China mu nkumi bbiri kkumi na mwenda." }, { "english": "When is a coronavirus patient taken to the intensive care unit?", "luganda": "Ddi omulwadde w'ekirwadde kya korona lw'atwalibwa mu waadi y'abayi?" }, { "english": "How many national referral hospitals are in Uganda?", "luganda": "Amalwaliro amakulu mu Uganda gali ammeka?" }, { "english": "Do you think it is necessary for the government to prepare for the third wave of coronavirus?", "luganda": "Olowooza kyetaagisa gavumenti okwetegekera ekitundu eky'okusatu eky'ekirwadde kya korona?" }, { "english": "Some people died of hunger during the lockdown.", "luganda": "Abantu abamu baafa njala mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "During the lockdown most of the economic activities were at a standstill.", "luganda": "Mu kiseera ky'omuggalo emirimu mingi gyayimirira." }, { "english": "Poverty has increased among Ugandans as a result of the pandemic.", "luganda": "Obwavu bweyongedde nnyo mu Uganda olw'ekirwadde." }, { "english": "Business people have requested the government to reduce the additional taxes on imported products.", "luganda": "Bannabyabusuubuzi basabye gavumenti ekkendeeze ku misolo egiggyibwa ku bintu ebireetebwa mu ggwanga." }, { "english": "Washing hands with soap has generally improved people's hygiene.", "luganda": "Okunaaba mu ngalo ne ssaabuuni kireetedde abantu okweyongera okuba abayonjo." }, { "english": "Some projects are entirely funded by the government.", "luganda": "Pulojeekiti ezimu gavumenti y'eziteekamu ssente." }, { "english": "Are there tax holidays for companies operating in Uganda?", "luganda": "Kampuni ezikolera mu Uganda ziweebwa akabanga nga tezisasula misolo?" }, { "english": "The public has been sensitized about the benefits of washing hands with soap.", "luganda": "Abantu basomeseddwa ku miganyulo egiri mu kunaaba mu ngalo ne ssaabuuni." }, { "english": "Rainwater is free.", "luganda": "Amazzi g'enkuba ga bwereere." }, { "english": "People have to pay electricity and water bills.", "luganda": "Abantu balina okusasula ebisale byabwe eby'amasanyalaze n'amazzi." }, { "english": "Our neighbors are prayerful Christians.", "luganda": "Baliraanwa baffe bakristaayo abasaba ennyo." }, { "english": "Uganda is a God-fearing nation.", "luganda": "Uganda nsi etya Katonda." }, { "english": "The cost of living in Kampala is high.", "luganda": "Okweyimirizaawo kuzibu nnyo mu Kampala." }, { "english": "Cabinet ministers preside over the departments of government.", "luganda": "Ba minisita be bakulembera ebitongole bya gavumenti." }, { "english": "Uganda has received vaccine donations from other countries.", "luganda": "Ensi endala ziwadde Uganda eddagala erikozesebwa mu kugema." }, { "english": "She called off tomorrow's meeting.", "luganda": "Ayimirizza olukungaana olubadde olw'okubaawo enkya." }, { "english": "Everyone entering the country should be tested for coronavirus.", "luganda": "Buli muntu ayingira eggwanga alina okukeberebwa ekirwadde kya korona." }, { "english": "He has been admitted to a hospital for two months now.", "luganda": "Kati amaze emyezi ebiri ng'aweereddwa ekitanda mu ddwaliro." }, { "english": "What is the best way for the government to recover the economy?", "luganda": "Ngeri ki esingayo obulungi gavumenti gy'eyinza okuddaabululamu eby'enfuna by'eggwanga?" }, { "english": "What is the role of the ministry of education and sports?", "luganda": "Ekitongole ky'eby'enjigiriza n'emizannyo kirina mulimu ki?" }, { "english": "How many football clubs are in Uganda?", "luganda": "Kilaabu mmeka ez'omupiira gw'ebigere eziri mu Uganda?" }, { "english": "I believe that Jesus Christ died and rose again.", "luganda": "Nkikkiriza nti Yesu Kristo yafa ate n'azuukira." }, { "english": "Decision making is one of the qualities of a good leader.", "luganda": "Okusalawo y'emu ku ngeri ennungi omukulembeze omulungi z'alina okuba nazo." }, { "english": "Football players hold different positions during the match.", "luganda": "Abazannyi b'ompiira gw'ebigere baba mu bifo bya njawulo ng'omuzannyo gugenda mu maaso." }, { "english": "He sponsored his trip to Uganda.", "luganda": "Yamusasulira olugendo lwe okujja mu Uganda." }, { "english": "What is the purpose of having associations?", "luganda": "Kigendererwa ki eky'okuba n'ebibiina?" }, { "english": "How many politicians were voted as Members Of Parliament this year?", "luganda": "Bannabyabufuzi bameka abaalondebwa okuba ababaka ba palamenti omwaka guno?" }, { "english": "What are some of the football clubs in Uganda?", "luganda": "Ezimu ku kilaabu z'omupiira gw'ebigere mu Uganda ze ziruwa?" }, { "english": "Sometimes people need a shoulder to lean on.", "luganda": "Oluusi abantu baba beetaaga omuntu okubayambako." }, { "english": "There is a telecommunication company closing its operations in Uganda next month.", "luganda": "Waliwo kampuni y'amasimu egenda okuggalawo emirimu gyaayo mu Uganda omwezi ogujja." }, { "english": "What we do today might influence our future.", "luganda": "Bye tukola leero biyinza okuba nga birina kye bikola ku biseera byaffe eby'omu maaso." }, { "english": "The different players in a match must work together in order to win the game.", "luganda": "Abazannyi abatali bamu mu muzannyo balina okukolera awamu okusobola okuwangula omuzannyo." }, { "english": "Healthy competitions could lead to economic development.", "luganda": "Okuvuganya okulungi kuyinza okutumbula enkulaakulana mu by'enfuna." }, { "english": "Her former boss apologized for the way he had treated her.", "luganda": "Eyali mukama we yeetonda olw'engeri gye yali amuyisizzaamu." }, { "english": "Countries are still trying to recover from the effects of coronavirus.", "luganda": "Ensi zikyagezaako okweddaabulala okuva ku ebyo ebyaleetebwa ekirwadde kya korona." }, { "english": "What is the difference between a skill and a talent?", "luganda": "Njawulo ki eri wakati w'obukugu n'ekitone?" }, { "english": "The year will be ending in the next three months.", "luganda": "Omwaka gujja kukomekkerezebwa mu myezi essatu egijja." }, { "english": "She wants to build her accounting career.", "luganda": "Ayagala okukulaakulanya omulimu gwe ogw'obubalirizi bw'ebitabo." }, { "english": "Which football team won the world cup?", "luganda": "Ttiimu ki ey'omupiira gw'ebigere eyawangula ekikopo ky'ensi yonna?" }, { "english": "Most sports activities require a lot of energy.", "luganda": "Emizannyo egisinga obungi gyetaagisa amaanyi mangi." }, { "english": "A spinal cord injury is very dangerous.", "luganda": "Kiba kya kabi nnyo okufuna obuvune ku nkizi." }, { "english": "He is qualified to teach university students.", "luganda": "Alina ebisaanyizo by'okusomesa abayizi ba yunivasite." }, { "english": "He had the highest score in the test.", "luganda": "Yafuna obubonero obusingayo okuba obwa waggulu mu kigezo." }, { "english": "Kids have limited exposure and knowledge on very many things.", "luganda": "Waliwo ebintu bingi nnyo abaana abato bye batamanyi." }, { "english": "Football teams do intensive training in order to win a match.", "luganda": "Ttiimu z'omupiira gw'ebigere zeetendeka nnyo okusobola okuwangula omuzannyo." }, { "english": "People are still active in sports betting because of their passion for football.", "luganda": "Abantu bakyali banyiikivu mu kukuba zzaala w'eby'emizannyo olw'okuba baagala nnyo omupiira gw'ebigere." }, { "english": "Players with minor injuries are first given first aid and then taken to the hospital.", "luganda": "Abazannyi ababa bafunye obuvune obutonotono basooka kuweebwa obujjanjabi obusookerwako ne balyoka batwalibwa mu ddwaliro." }, { "english": "Which teams were in the Champions League?", "luganda": "Ttiimu ki ezaali mu liigi ya bannantammegwa?" }, { "english": "He became a qualified doctor after pursuing a bachelor's degree in medicine.", "luganda": "Yafuuka dokita oluvannyuma lw'okufuna diiguli eya bbakyala mu by'enzijjanjaba." }, { "english": "What are the benefits of hiring workers on a contract?", "luganda": "Miganyulo ki egiri mu kukozesa abakozi ku kontulakita?" }, { "english": "Some physical injuries can result into disability.", "luganda": "Obuvune obumu buyinza okuvaako obulema." }, { "english": "How much does a football coach earn?", "luganda": "Ssente mmeka omutendesi w'omupiira gw'ebigere z'afuna?" }, { "english": "Some injuries can result into permanent damage.", "luganda": "Obuvune obumu buyinza okuvaako ekizibu eky'enkalakalira." }, { "english": "Some politicians lost the elections.", "luganda": "Bannabyabufuzi abamu baawangulwa mu kalulu." }, { "english": "Her mother is a very tough woman.", "luganda": "Maama we mukazi mukambye nnyo." }, { "english": "Babies start movement by crawling.", "luganda": "Abaana abawere batandika okuva mu kifo nga baavula." }, { "english": "Unfortunately no one was around to rescue her from the robbers.", "luganda": "Eky'omukisa omubi tewali yaliwo okumuwonya abazigu." }, { "english": "What is the use of social media?", "luganda": "Emikuttu emigattabantu girina mugaso ki?" }, { "english": "Honorable ministers are valuable people to the country.", "luganda": "Ba minisita baba bantu ba muwendo nnyo mu ggwanga." }, { "english": "Do not hang around people with bad behaviors.", "luganda": "Totambula na bantu ab'empisa embi." }, { "english": "Wildlife attracts tourists from all parts of the world.", "luganda": "Abisolo by'omu nsiko bisikiriza abalambuzi okuva mu bitundu byonna eby'ensi." }, { "english": "Restrictions on travel hindered tourists from visiting new places.", "luganda": "Amateeka agassibwawo mu by'entambula gaalemesa abalambuzi okukyalira ebifo ebipya." }, { "english": "The government has lost money in the tourism sector as a result of the pandemic.", "luganda": "Gavumenti efiiriddwa ssente mu kitongole ky'eby'obulambuzi olw'ekirwadde." }, { "english": "How has Uganda benefited from being part of the East African Community?", "luganda": "Uganda eganyuddwa etya mu kuba ekitundu ku East African Community?" }, { "english": "Uganda has several tourist centers.", "luganda": "Uganda erina ebifo bingi eby'obulambuzi." }, { "english": "What should government do to create jobs for the youth?", "luganda": "Kiki gavumenti ky'erina okukola okusobola okutandikirawo abavubuka emirimu?" }, { "english": "The tourism sector has contributed to the economic development of the country.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'obulambuzi kirina kye kikoze ku kukulaakulana kw'eby'enfuna by'eggwanga." }, { "english": "The number of tourists in the country has reduced because of the pandemic.", "luganda": "Omuwendo gw'abalambuzi abajja mu ggwanga gukendedde olw'ekirwadde." }, { "english": "What should be done to support the tourism sector in Uganda?", "luganda": "Kiki ekirina okukolebwa okuwagira ekitongole ky'eby'obulambuzi mu Uganda?" }, { "english": "Wild animals are the main attraction for tourists in Uganda.", "luganda": "Ebisolo by'omu nsiko bye bisinga okusikiriza abalambuzi mu Uganda." }, { "english": "Some wild animals are almost extinct.", "luganda": "Ebisolo ebimu kumpi tebikyaliwo." }, { "english": "Besides wildlife what else attracts tourists into the country?", "luganda": "Ng'oggyeko ebisolo by'omu nsiko kiki ekirala ekisikiriza abalambuzi mu ggwanga?" }, { "english": "Wild animals are kept safe in national parks and the zoo.", "luganda": "Ebisolo by'omu nsiko bikuumibwa ne bitatuukibwako kizibu nga biri mu kkuumiro ly'ebisolo ne mu zzu." }, { "english": "How much funds were allocated to the tourism sector in the national budget?", "luganda": "Ssente mmeka ezaaweebwa ekitongole ky'eby'obulambuzi mu mbalirira y'eggwanga?" }, { "english": "What is the benefit of conserving wildlife?", "luganda": "Muganyulo ki oguli mu butasaanyaawo bisolo by'omu nsiko?" }, { "english": "Some animals species are extinct from this world.", "luganda": "Ebikka by'ebisolo ebimu tebikyaliwo mu nsi eno." }, { "english": "Why is wildlife protected?", "luganda": "Lwaki ebisolo by'omu nsiko bikuumibwa?" }, { "english": "What can government do to boost the tourism sector?", "luganda": "Kiki gavumenti ky'eyinza okukola okutumbula ekitongole ky'eby'obulambuzi?" }, { "english": "Poaching is one of the challenges faced by wildlife.", "luganda": "Okuyigga ebisolo mu ngeri emmenya amateeka kwe kumu ku kusoomooza ekitongole ky'ebisolo eby'omu nsiko bwe kyolekaganye nakwo." }, { "english": "Rhinoceros are hunted and killed for their horns.", "luganda": "Enkula ziyiggibwa era ne zittibwa olw'amayembe gaazo." }, { "english": "She revealed her secret to him.", "luganda": "Yamubuulira ekyama kye." }, { "english": "More areas need to be gazetted purposely for wildlife.", "luganda": "Ebifo ebimu birina okulekerwa ebisolo eby'omu nsiko." }, { "english": "What are some of the diseases that can affect both animals and human beings?", "luganda": "Ezimu ku ndwadde ezikwata abantu n'ensolo ze ziruwa?" }, { "english": "Diseases will continue to exist among people.", "luganda": "Endwadde zijja kweyongera okuba mu bantu." }, { "english": "Asthma and lung cancer are some of the respiratory diseases.", "luganda": "Asima ne kookoolo ow'amawugwe ze zimu ku ndwadde eziremesa omuntu okussa." }, { "english": "Are there any conditions to meet before going for a coronavirus test?", "luganda": "Waliwo embeera erina okutuukibwako nga tonnagenda kukeberebwa kirwadde kya korona?" }, { "english": "People entering the country should be tested for coronavirus at the airport.", "luganda": "Abantu abayingira mu ggwanga balina okukeberebwa ekirwadde kya korona ku kisaawe ky'ennyonyi." }, { "english": "Eating foods rich in vitamins helps to boost immunity.", "luganda": "Okulya emmere erimu ekirungo kya vitamini kiyamba okutumbula amaanyi g'omubiri." }, { "english": "Coronavirus has affected some parts of Africa.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kikosezza ebitundu ebimu ebya Afirika." }, { "english": "Medical supplies such as masks gloves and others should be available in the hospitals.", "luganda": "Ebintu ebikozesbwa abasawo gamba nga masiki giraavu n'ebirala birina okubaawo mu malwaliro." }, { "english": "Health workers have treated coronavirus cases.", "luganda": "Abasawo bajjanjabye abalwadde b'ekirwadde kya korona." }, { "english": "Couples are encouraged to test for certain diseases before getting married.", "luganda": "Abaagala okufumbiriganwa bakubirizibwa okwekebeza ezimu ku ndwadde nga tebannafumbiriganwa." }, { "english": "Nations have resorted to vaccination as a means to fight the pandemic.", "luganda": "Amawanga gasazeewo okugema nga kino kye kijja okuyamba okulwanyisa ekirwadde." }, { "english": "Health workers aim at saving people's lives in hospitals.", "luganda": "Abasawo balina ekiruubirirwa eky'okuwonyaawo obulamu bw'abantu mu malwaliro." }, { "english": "Uganda needs to improve its public health system.", "luganda": "Uganda erina okulongoosa embeera y'amalwaliro gaayo." }, { "english": "What is the total number of coronavirus deaths in Africa?", "luganda": "Omuwendo ogw'awamu ogw'abantu abafudde ekirwadde kya korona mu Afirika gwe guluwa?" }, { "english": "There are seven continents on planet earth.", "luganda": "Ku nsi kuliko ssemazinga musanvu." }, { "english": "Some countries in Africa have come up with their own coronavirus treatment.", "luganda": "Ensi ezimu mu Afirika zivuddeyo n'engeri zaazo ez'okujjanjabamu ekirwadde kya korona." }, { "english": "Where are military weapons procured from?", "luganda": "Eby'okulwanyisa by'amaggye bigulibwa ludda wa?" }, { "english": "Armed groups are a threat to the government in power.", "luganda": "Ebibiina ebimu ebirina eby'okulwanyisa bya mutawaana eri gavumenti eri mu buyinza." }, { "english": "There are very many Democratic Republic Congolese who have come to Uganda as refugees.", "luganda": "Waliwo abanoonyi b'obubudamo bangi abaze mu Uganda nga bava mu Congo." }, { "english": "Why do countries get involved in the politics of other countries?", "luganda": "Lwaki ensi endala zeenyigira mu by'obufuzi bw'ensi endala?" }, { "english": "What is the purpose of opposition to the government?", "luganda": "Oludda oluvuganya lulina kigendererwa ki eri gavumenti?" }, { "english": "The United Nations has helped African countries in fighting against the pandemic.", "luganda": "Ekibiina ky'amawanga amagatte kiyambye ensi za Afirika okulwanyisa ekirwadde." }, { "english": "We need to ask an expert before making a decision.", "luganda": "Tulina okubaako omukugu gwe twebuuzaako nga tetunnasalawo." }, { "english": "My sister applied for a teaching job at her former secondary school.", "luganda": "Mwannyinaze yasaba omulimu gw'obusomesa mu ssomero gye yasomera siniya." }, { "english": "Successful applicants will receive a notification within the week.", "luganda": "Abawaddeyo okusaba kwabwe abannaaba bayiseemu bajja kutegeezebwa mu wiiki eyo yennyini." }, { "english": "My uncle has traveled all over the world.", "luganda": "Kojja wange attambudde ensi yonna." }, { "english": "The parcel was delivered two weeks back.", "luganda": "Ekitereke kyaleetebwa wiiki bbiri emabega." }, { "english": "The patient was transferred to another hospital.", "luganda": "Omulwadde yatwalibwa mu ddwaliro eddala." }, { "english": "We should follow the country's rules and regulations.", "luganda": "Tulina okugoberera amateeka n'obulagirizi bw'eggwanga." }, { "english": "The truck has just delivered the building materials to the site.", "luganda": "Loole ebadde yaakaleeta eby'okuzimbisa mu kifo we bazimba." }, { "english": "Firefighters are investigating the cause of the fire that burnt down the building.", "luganda": "Abazimyamoto banoonyereza ekyavuddeko omuliro ogwayokeza ekizimbe." }, { "english": "He served as Uganda's chief justice for five years.", "luganda": "Yaweereza nga ssabalamuzi wa Uganda okumala emyaka etaano." }, { "english": "She erased all the messages that were on her phone.", "luganda": "Yasangula obubaka bwonna obwali ku ssimu ye." }, { "english": "Each committee member was given a different task to complete.", "luganda": "Buli omu ku bali ku kakiiko yaweebwa omulimu ogw'enjawulo ogw'okumaliriza." }, { "english": "My contract will officially end on Saturday.", "luganda": "Kontulakita yange ejja kukoma ku Lwamukaaga." }, { "english": "We have to deal with some unfinished business.", "luganda": "Tulina okukola ku ebyo ebitannaggwa." }, { "english": "A building collapsed in Makindye town killing thirteen people.", "luganda": "Ekizimbe kyaggwa mu tawuni y'e Makindye ne kitta abantu kkumi na basatu." }, { "english": "She was appointed as the new deputy headteacher at our school.", "luganda": "Yalondebwa okuba omumyuka w'omukulu w'essomero lyaffe." }, { "english": "I have finished my research assignment.", "luganda": "Mmaliriza ebyampeebwa okunoonyerezaako." }, { "english": "Our new boss wants us to work in teams of three.", "luganda": "Mukama waffe omupya ayagala tukolere mu bibinja bya bantu basatu basatu." }, { "english": "This room has only one exit.", "luganda": "Ekisenge kino kirina omulyango gumu gwokka ogufuluma." }, { "english": "The Ugandan government has issued land titles to twenty three Mbale residents.", "luganda": "Gavumenti ya Uganda ewadde abantu abiri mu basatu ebyappa by'ettaka e Mbale." }, { "english": "She was appointed acting president until the end of this presidential term.", "luganda": "Yalondebwa okugira ng'akola nga pulezidenti okutuusa ng'ekisanja kya pulezidenti kino kiweddeko." }, { "english": "He fell from a ladder and broke his arm.", "luganda": "Yaggwa okuva ku ddaala n'amenyeka omukono gwe." }, { "english": "The best way to keep your daughter safe is to supervise her.", "luganda": "Engeri esingayo obulungi ey'okukuumamu muwalawo n'atatuukibwako kizibu kwe kumulabirira." }, { "english": "She is the chief magistrate of Masaka High Court.", "luganda": "Ye mulamuzi omukulu owa kkooti enkulu ey'e Masaka." }, { "english": "I will be the next manager upon the retirement of the current one.", "luganda": "Nze nja okuba maneja addako ono aliko bw'annaabanga awummudde." }, { "english": "She sold most of her property when she was relocating to the village.", "luganda": "Yatunda ebintu bye ebisinga obungi bwe yali addayo okubeera mu kyalo." }, { "english": "The manager is expected to endorse these recommendations.", "luganda": "Maneja asuubirwa okussa omukono ku bbaluwa zino." }, { "english": "There is an Ebola outbreak in Eastern Uganda.", "luganda": "Mu Buvanjuba bwa Uganda ebaluseeyo ekirwadde kya Ebola." }, { "english": "Pesticides are chemicals used to prevent pests from attacking crops.", "luganda": "Eddagala eritta ebiwuka likozesebwa mu kutangira ebiwuka obutalumba birime." }, { "english": "My uncle planted maize on four acres of land.", "luganda": "Kojja wange yasimba kasooli ku yiika bbiri ez'ettaka." }, { "english": "The bookshop was destroyed by fire.", "luganda": "Edduuka ly'ebitabo lyasanyizibwawo omuliro." }, { "english": "The disease is known to cause permanent brain damage.", "luganda": "Kimanyiddwa nti obulwadde obwo busobola okwonoonera ddala obwongo." }, { "english": "The noise from the factory affected our work.", "luganda": "Amaloboozi okuva mu kkolero gaataataaganya omulimu gwaffe." }, { "english": "The government has just declared a state of emergency.", "luganda": "Gavumenti egambye nti waliwo embeera ey'obwerinde." }, { "english": "An insect has fallen into my eye.", "luganda": "Waliwo akawuka akagudde mu liiso lyange." }, { "english": "His maize plantation was destroyed by pests.", "luganda": "Ebirime bye ebya kasooli byasaanyizibwawo ebiwuka." }, { "english": "I bought a spray to kill the weeds.", "luganda": "Nnagula ebbomba okufuuyira omuddo." }, { "english": "I haven't heard from your brother since January last year.", "luganda": "Okuva mu mwezi gw'olubereberye omwaka oguwadde siddangamu kuwulira bifa ku muganda wo." }, { "english": "The government spent a lot of money on improving infrastructures in public universities.", "luganda": "Gavumenti yasaasaanya ssente nnyingi nnyo mu kutereeza embeera za yunivasite za gavumenti." }, { "english": "Most people in Uganda do not have access to the internet.", "luganda": "Abantu abasinga obungi mu Uganda tebakozesa yintaneeti." }, { "english": "You should consider renting a house near your workplace.", "luganda": "Osaanidde okulowooza ku ky'okupangisa ennyumba okumpi ne w'okolera." }, { "english": "The journey from my home to my workplace is approximately two miles.", "luganda": "Olugendo okuva ewange okutuuka we nkolera luweza mayiro nga bbiri." }, { "english": "When do you expect to harvest your groundnuts?", "luganda": "Osuubira ddi okukungula ebinyeebwa byo?" }, { "english": "The police recovered the bodies of two people from the building which had collapsed.", "luganda": "Poliisi yazuula emirambo gya bantu babiri okuva mu kizimbe ekyali kigudde." }, { "english": "One of the biggest problems in the world today is food insecurity.", "luganda": "Ekimu ku bizibu ebisingayo okuba eby'amaanyi mu nsi leero kikwata ku bbula ly'emmere." }, { "english": "He donated food items to the teachers who have been affected by the closure of schools.", "luganda": "Yawa abasomesa emmere abaakoseddwa olw'okuggalawo amasomero." }, { "english": "The village was declared a disaster area after the floods.", "luganda": "Ekyalo kyatwalibwa okuba ekifo eky'akatyabaga oluvannyuma lw'amataba." }, { "english": "Droughts are a direct result of increasing global temperatures.", "luganda": "Ekyeya kivudde ku kuba nti ensi yonna yeeyongedde okubuguma." }, { "english": "Despite being diagnosed with cancer she remained resilient and fought until the very end.", "luganda": "Wadde nga baamuzuulamu kookoolo yasigala muggumu era n'alwana okutuukira ddala ku nkomerero." }, { "english": "My brother was shocked by the electricity.", "luganda": "Muganda wange yakubwa amasanyalaze." }, { "english": "The company needs more financial assistance from the government.", "luganda": "Kampuni yeetaaga obuyambi bw'ensimbi obulala okuva mu gavumenti." }, { "english": "He will represent Uganda in the East African legislative assembly.", "luganda": "Ajja kukiikirira Uganda mu lukiiko lwa palamenti ya East Africa." }, { "english": "He predicted that he would lose the election.", "luganda": "Yakiteebereza nti ajja kuwangulwa mu kulonda." }, { "english": "He hired some people to help him harvest his maize.", "luganda": "Alina abantu be yapangisa okumuyamba okukungula kasooli we." }, { "english": "Several parts of northern Uganda are usually dry.", "luganda": "Ebifo bingi eby'Ebukiikakkono bwa Uganda bitera kuba bikalu." }, { "english": "Kidepo National park is found in northeastern Uganda.", "luganda": "Ekkuumiro ly'ebisolo ery'e Kidepo liri mu bukiikakkono bw'ebuvanjuba bwa Uganda." }, { "english": "I thought you would refund my transport.", "luganda": "Nnabadde ndowooza nti ojja kunziriza ssente zange ez'entambula." }, { "english": "He is one of the drummists in the church choir.", "luganda": "Y'omu ku bakubi b'engooma mu kwaaya ya kkanisa." }, { "english": "His supervisor told him to change his research topic.", "luganda": "Mukama we yamugamba akyuse ensonga gye yabadde agenda okunoonyerezaako." }, { "english": "She is the longest-serving teacher at the school.", "luganda": "Ye musomesa akyasinze okusomesa ekiseera ekiwanvu ku ssomero." }, { "english": "The Queen of Britain inherited the throne from her father.", "luganda": "Nnabakyala wa Bungereza yasikira nnamulondo okuva ku kitaawe." }, { "english": "His parents promised to buy him a phone if he passed his exams.", "luganda": "Bazadde be baamusuubiza okumugulira essimu bw'annaayita ebibuuzo bye." }, { "english": "She wore a unique fashionable dress.", "luganda": "Yayambala olugoye olw'enjawulo olulabika obulungi." }, { "english": "Our science teacher was involved in an accident while on his way to school.", "luganda": "Omusomesa waffe owa sayansi yagwa ku kabenje bwe yali agenda ku ssomero." }, { "english": "Many people say that I resemble my father.", "luganda": "Abantu bangi bagamba nti nfaanana taata wange." }, { "english": "My father and I love swimming.", "luganda": "Nze ne taata wange twagala nnyo okuwuga." }, { "english": "That old man has been selling newspapers for a very long time.", "luganda": "Omusajja omukadde oyo amaze ekiseera kiwanvu ng'atunda mpapula z'amawulire." }, { "english": "Some schools could not meet the guidelines set by the ministry.", "luganda": "Amasomero agamu tegaasobola kutuukiriza bulagirizi bwagaweebwa minisitule." }, { "english": "My father was the head of the science department at my former school.", "luganda": "Kitange ye yali akulira ekitongole kya sayansi mu ssomero gye nnasomeranga." }, { "english": "He works as a volunteer with the Red Cross.", "luganda": "Akola nga nnakyewa mu Red Cross." }, { "english": "The World Health Organization chairman visited Uganda.", "luganda": "Ssentebe w'ekibiina ky'eby'obulamu eky'ensi yonna yakyalira Uganda." }, { "english": "The president of Uganda flagged off the athletes to the African athletics competitions.", "luganda": "Pulezidenti wa Uganda yasiibula bannabyamizannyo nga bagenda ku mpaka z'emizannyo egya Afirika." }, { "english": "The football games competition was organized by the member of parliament.", "luganda": "Empaka z'omuzannyo gw'omupiira gw'ebigere zaategekebwa omubaka wa palamenti." }, { "english": "Sick people are advised to swallow their medicine after eating something.", "luganda": "Abalwadde bakubirizibwa okumira eddagala lyabwe nga bamaze okubaako kye balya." }, { "english": "The chairperson of the organizing committee thanked everyone who attended the party.", "luganda": "Ssentebe w'akakiiko akategesi yeebaza buli omu eyali ku kabaga." }, { "english": "They missed their flight because their coronavirus test results hadn't yet been released.", "luganda": "Baasuubwa ennyonyi gye baali bagenda okulinnya kubanga ebyava mu kukeberebwa ekirwadde kya korona byali tebinnavaayo." }, { "english": "The two boys standing at the class entrance are my brothers.", "luganda": "Abalenzi ababiri abayimiridde ku mulyango gw'ekibiina baganda bange." }, { "english": "The Member of Parliament donated masks and sanitizers to the hospital.", "luganda": "Omubaka wa palamenti yawa eddwaliro masiki ne sanitayiza." }, { "english": "He said that his father inspired him to join athletics.", "luganda": "Yagamba nti kitaawe ye yamusikiriza okwenyigira mu by'emizannyo." }, { "english": "The new stadium will be able to accommodate twenty thousand people.", "luganda": "Ekisaawe ky'omupiira ekipya kijja kusobola okutuuzza abantu emitwalo ebiri." }, { "english": "Health officials closed many drug shops during the inspection exercise.", "luganda": "Abakungu b'eby'obulamu baaggalawo amatundiro g'eddagala mangi bwe baali ku mulimu gwabwe ogw'okulambula." }, { "english": "The first athlete to cross the finish line is the winner.", "luganda": "Omuddusi asooka okutuuka ku kaguwa y'aba awangudde." }, { "english": "He talked to journalists after winning the race.", "luganda": "Yayogera ne bannamawulire oluvannyuma lw'okuwangula emisinde." }, { "english": "I need to replace my phone screen.", "luganda": "Essimu yange njagala kugissaako ekirawuli ekipya." }, { "english": "My mother started making masks during the first lockdown.", "luganda": "Maama wange yatandika okukola masiki mu kiseera ky'omuggalo ogwasooka." }, { "english": "Many people watched the king's wedding on television.", "luganda": "Abantu bangi embaga ya kabaka baagirabira ku ttivi." }, { "english": "The Ministry of Education released new guidelines that must be adhered to before the schools are reopened.", "luganda": "Ekitongole ky'eby'enjigiriza kyafulumya obulagirizi obuggya obulina okugobererwa ng'amasomero tegannaggulwawo." }, { "english": "The documents I took to the bank were proven to be fake.", "luganda": "Ebiwandiiko bye nnatwala mu bbanka kyakakasibwa nti byali bigingirire." }, { "english": "My parents want me to first get married traditionally before giving birth.", "luganda": "Bazadde bange baagala nsooke nfumbizibwe mu ngeri y'obuwangwa nga ssinnazaala mwana." }, { "english": "Most of the people went to the village before the lockdown.", "luganda": "Abantu abasinga obungi baagenda mu kyalo ng'omuggalo tegunnassibwawo." }, { "english": "Most of the rich people live in Kololo.", "luganda": "Abantu abagagga abasinga obungi babeera Kololo." }, { "english": "Part of the stolen money was recovered.", "luganda": "Ssente ezimu ezabbibwa zaazuulibwa." }, { "english": "The prime minister visited the people affected by the floods.", "luganda": "Ssabaminisita yakyalira abantu abaakosebwa amataba." }, { "english": "The court ordered him to stop evicting people from the land.", "luganda": "Kkooti yamulagira okulekera awo okugoba abantu ku ttaka." }, { "english": "Seven billion Ugandan shillings were allocated to construct a new airport in Hoima.", "luganda": "Obuwumbi musanvu obw'ensimbi za Uganda bwateekebwawo okuzimba ekisaawe ky'ennyonyi e Hoima." }, { "english": "Child labor and child marriages are forms of child abuse.", "luganda": "Okukozesa abaana abato emirimu n'okufumbiza abaana abato bye bimu ku bintu ebityoboola abaana." }, { "english": "The government will compensate people affected by the construction of the road.", "luganda": "Gavumenti ejja kuliyirira abantu abaakosebwa olw'okuzimba ekkubo." }, { "english": "The chief magistrate postponed the court hearing to next month.", "luganda": "Omulamuzi omukulu yayongerayo okuwulirizibwa kw'omusango mu kkooti okutuusa omwezi ogujja." }, { "english": "The teacher confiscated his phone.", "luganda": "Omusomesa yabulankanya essimu ye." }, { "english": "She heads the anti-corruption unit in State House.", "luganda": "Y'akulira ekitongole ekirwanyisa obuli bw'enguzi mu mu maka g'obwa pulezidenti." }, { "english": "The Uganda Olympic winners were recognized by the president.", "luganda": "Bannayuganda abaawangula emizannyo gya olimpiki baasiimibwa pulezidenti." }, { "english": "What is the purpose of an affidavit?", "luganda": "Kigendererwa ki ekiri mu kukuba ekirayiro?" }, { "english": "One can now apply for a passport online using the online application system.", "luganda": "Kati omuntu asobola okusaba okufuna paasipoota ng'ayitira ku mukutu gwa yintaneeti." }, { "english": "Women usually take on their husbands' last names when they get married.", "luganda": "Abakazi bwe bafumbirwa batera okukozesa amannya ga babbaabwe ag'ekikka." }, { "english": "He published his book in two thousand eighteen.", "luganda": "Yafulumya ekitabo kye mu nkumi bbiri mu kkumi na munaana." }, { "english": "The Uganda Gazette is open and accessible to the general public.", "luganda": "Buli muntu yenna asobola okufuna olupapula lw'amawulire olwa Uganda Gazette." }, { "english": "What is the purpose of signing documents?", "luganda": "Okussa omukono ku kiwandiiko kirina kigendererwa ki?" }, { "english": "The land title is registered in my grandmother's name.", "luganda": "Ekyappa ky'ettaka kyawandiisibwa mu linnya lya jjajja omukazi." }, { "english": "She contacted her lawyer for legal advice.", "luganda": "Yatuukirira looya we amuwe amagezi ku by'amateeka." }, { "english": "He advocates for a new Uganda.", "luganda": "Ayogerera Uganda empya." }, { "english": "I contacted him via email.", "luganda": "Nnamutuukirira okuyitira ku mukutu gwa yintaneeti." }, { "english": "How much funds were allocated to the agricultural sector this financial year?", "luganda": "Ssente mmeka ezaaweebwa ekitongole ky'eby'obulimi n'obulunzi omwaka guno ogw'eby'ensimbi?" }, { "english": "Commercial farmers should adapt to modern ways of farming.", "luganda": "Abo abalima eby'okutunda balina okugoberera enkola eri ku mulembe." }, { "english": "Agriculture is the major source of livelihood in Uganda.", "luganda": "Obulimi n'obulunzi bye bisinga okuyimirizzaawo abantu mu Uganda." }, { "english": "Uganda exports its agricultural produce to countries like South Sudan.", "luganda": "Uganda etwala ebirime byaayo mu nsi gamba nga South Sudan." }, { "english": "She got a salary increment this year.", "luganda": "Omwaka guno yayongezebwako omusaala." }, { "english": "National statistics show that seventy percent of Ugandans practice agriculture.", "luganda": "Ebiwandiiko by'eggwanga biraga nti Bannayuganda ebitundu nsaanvu ku buli kikumi bali mu bya bulimi." }, { "english": "The pandemic negatively affected international trade.", "luganda": "Ekirwadde kyakosa nnyo eby'obusuubuzi bw'ensi yonna." }, { "english": "What is the purpose of irrigation?", "luganda": "Mugaso ki oguli mu kufukirira?" }, { "english": "What are the benefits of using machines for farming?", "luganda": "Miganyulo ki egiri mu kukozesa ebyuma mu kulima?" }, { "english": "In April two thousand twenty Uganda was invaded by desert locusts from Kenya.", "luganda": "Mu mwezi gw'okuna mu nkumi bbiri mu abiri Uganda yalumbibwa enzige okuva e Kenya." }, { "english": "What happens at a coronation ceremony?", "luganda": "Kiki ekibaawo ku mukolo gw'okuttikira?" }, { "english": "One of the coronavirus health guidelines is to wear a mask while in public.", "luganda": "Obumu ku bulagirizi bw'okwetangira ekirwadde kya korona kwe kwambala masiki ng'oli mu kifo ky'olukale." }, { "english": "As a result of the pandemic people have resorted to scientific weddings.", "luganda": "Olw'okuba waliwo ekirwadde kati abantu embagga bakola za sayansi." }, { "english": "The general public must follow the coronavirus health guidelines set by the government.", "luganda": "Abantu bonna balina okugoberera obulagirizi obukwata ku kwetangira ekirwadde kya korona obwateekebwawo gavumenti." }, { "english": "What is the best way to fight against diseases in the community?", "luganda": "Ngeri ki esingayo obulungi ey'okulwanyisaamu endwadde mu bantu?" }, { "english": "Besides coronavirus have there been any other pandemics before?", "luganda": "Ng'oggyeko ekirwadde kya korona wali wabaddewo ekirwadde ekirala?" }, { "english": "What role is played by culture in society today?", "luganda": "Eby'obuwangwa bigasa bitya abantu leero?" }, { "english": "He is a third year university student.", "luganda": "Muyizi wa yunivasite ali mu mwaka gwe ogw'okusatu." }, { "english": "She did not have enough money to buy food.", "luganda": "Teyalina ssente zimala kugula mmere." }, { "english": "When is Father's Day celebrated?", "luganda": "Olunaku lwa bataata lukwatibwa ddi?" }, { "english": "She gifted her husband a watch.", "luganda": "Yawa omwami we ekirabo kya ssaawa." }, { "english": "Parents need to spare time for their children during the school holidays.", "luganda": "Abazadde balina okufiisizaawo abaana baabwe akadde mu biseera by'oluwummula." }, { "english": "What is your favorite dish?", "luganda": "Mmere ki gy'osinga okwagala?" }, { "english": "Her father had over fifty children from different mothers.", "luganda": "Kitaawe yalina abaana abasukka mu amakumi ataano mu ba maama ab'enjawulo." }, { "english": "Uganda had one silver medalist in the Tokyo Olympics this year.", "luganda": "Uganda yalina omuntu omu yekka eyafuna omudaali ogwa ffeeza mu mpaka za olimpiki ezaali mu Tokyo omwaka guno." }, { "english": "Some people are not talented at sports.", "luganda": "Abantu abamu tebalina bitone mu by'emizannyo." }, { "english": "Her article was published in the school magazine.", "luganda": "Bye yawandiika byafulumira mu magazini y'essomero." }, { "english": "Some people never want to go back to their families in the village.", "luganda": "Abantu abamu tebaagala kuddayo eri ab'omu maka gaabwe mu byalo." }, { "english": "Some people think that it is satanic to tattoo your body.", "luganda": "Abantu abamu balowooza nti kiba kikolwa kya setaani okwekuba tattu ku mubiri." }, { "english": "Most people strive to establish a legacy before they die.", "luganda": "Abantu abamu bafuba nnyo okulekawo omukululo nga bafudde." }, { "english": "She lives in an incomplete house.", "luganda": "Abeera mu nnyumba ettannagwa." }, { "english": "There are different kinds of games one can play.", "luganda": "Waliwo emizannyo egy'engeri ez'enjawulo omuntu gy'ayinza okuzannya." }, { "english": "The western world has an influence on our culture today.", "luganda": "Ensi z'abazungu zirina kye zikola ku buwangwa bwaffe leero." }, { "english": "Our home team won the competitions.", "luganda": "Ttiimu ey'ewaffe yawangula empaka." }, { "english": "Kids enjoy eating the cake icing.", "luganda": "Abaana abato bawoomerwa okulya ayisi abeera ku keeki." }, { "english": "It took him a lot of time to set up the equipments for videography.", "luganda": "Kyamutwalira obudde bungi okussaawo ebyuma eby'okukwata ebifaananyi." }, { "english": "Someone from a poor family can still be successful in life.", "luganda": "Omuntu ava mu maka amaavu asobola okuba obulungi mu bulamu." }, { "english": "She was wearing golden jewelry.", "luganda": "Yali ayambadde amajolobera aga zzaabu." }, { "english": "The taste of wine was awesome.", "luganda": "Envinnyo yali ewooma nnyo." }, { "english": "Students in candidate classes go for a vacation after sitting for their national examinations.", "luganda": "Abayizi abali mu bibiina ebyakamalirizo bagenda mu luwummula oluvannyuma lw'okutuula ebibuuzo byabwe eby'eggwanga lyonna." }, { "english": "The path was very narrow for the car to pass.", "luganda": "Ekkubo lyali ffunda nnyo ng'emmotoka tesobola kuyitawo." }, { "english": "As a result of hunger he was tempted to steal his friend's wallet.", "luganda": "Enjala okumuluma kyamuviirako okubba akasawo ka mukwano gwe." }, { "english": "She defended her religious beliefs.", "luganda": "Yawolereza enzikkiriza z'eddiini ye." }, { "english": "Four years back he was a poor man.", "luganda": "Emyaka ena emabega yali musajja mwavu." }, { "english": "He rarely argues with people.", "luganda": "Tatera kuwakana na bantu." }, { "english": "We cleaned the house thoroughly yesterday.", "luganda": "Ennyumba twagiyonjezza nnyo olunaku lwa jjo." }, { "english": "He gave a speech in reference to the ongoing situation in the country.", "luganda": "Yawa okwogera ku bikwata ku mbeera egenda mu maaso mu ggwanga." }, { "english": "Uganda has talented athletes.", "luganda": "Uganda erina abaddusi ab'ebitone." }, { "english": "She is afraid of staying alone in the house.", "luganda": "Atya okubeera yekka mu nnyumba." }, { "english": "He excused himself from the meeting.", "luganda": "Yeesonyiwa olukungaana." }, { "english": "Attaining a degree from the university was a very big achievement for him and his family.", "luganda": "Okufuna diiguli okuva mu yunivasite kyali kintu ky'amaanyi nnyo kye yali atuuseeko n'ab'omu maka ge." }, { "english": "The second runner-up in the race was given a bronze medal.", "luganda": "Eyali ow'okubiri mu misinde yaweebwa omudaali ogw'ekikomo." }, { "english": "Every culture has its own beliefs.", "luganda": "Buli buwangwa bulina enzikkiriza zaabwo." }, { "english": "She looked so beautiful in her wedding gown.", "luganda": "Yalabika bulungi nnyo mu gawuni ye ey'embagga." }, { "english": "He did not like her dress code.", "luganda": "Teyayagala nnyambala ye." }, { "english": "The football team got a new coach.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira yafuna omutendesi omupya." }, { "english": "She came with her baby to the party.", "luganda": "Yajja n'omwana we omuwere ku kabaga." }, { "english": "Shy people find it hard to look directly into people's eyes.", "luganda": "Abantu ab'ensonnyi kibazibuwalira okutunuula obutereevu abantu mu maaso." }, { "english": "Running is a good exercise that helps our bodies to keep fit.", "luganda": "Okudduka dduyiro mulungi ayamba omubiri okuba obulungi." }, { "english": "The boy is deaf.", "luganda": "Omulenzi kiggala." }, { "english": "It is not easy to make a world record.", "luganda": "Si kyangu okukola likodda y'ensi yonna." }, { "english": "He finished the race in less than a minute.", "luganda": "Emisindde yagimalira mu bbanga eritaweza na ddakiika." }, { "english": "Her phone is in vibration mode.", "luganda": "Essimu ye yeenyeenya bwennyeenya." }, { "english": "Individuals donated money and food to the government during the lockdown.", "luganda": "Abantu kinnoomu baawaayo ssente n'emmere eri gavumenti mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "It is assumed that some of the arrested murder suspects are innocent.", "luganda": "Kirowoozebwa nti abamu ku abo abaakwatibwa nga bateeberezebwa okuba abassi tebalina musango." }, { "english": "He failed to pay his rent because he does not have a job.", "luganda": "Yalemererwa okusasula ssente ez'obupangisa kubanga talina mulimu." }, { "english": "Her son will be joining high school next year.", "luganda": "Mutabani we ajja kugenda mu sekendule omwaka ogujja." }, { "english": "My parents have been married for thirty years now.", "luganda": "Bazadde bange babadde bafumbo okumala emyaka amakumi asatu." }, { "english": "I missed out on the details of the story.", "luganda": "Ebisinga ebikwata ku lugero olwo byampitako." }, { "english": "We have not heard any updates about coronavirus in a while.", "luganda": "Tumaze akabanga nga tetutegeezebwa bikwata ku kirwadde kya korona." }, { "english": "One of the former prime ministers of Uganda died in two thousand nineteen.", "luganda": "Omu ku abo abaaliko ba ssabaminisita ba Uganda yafa mu nkumi bbiri mu kkumi na mwenda." }, { "english": "How many participants were in the one hundred meter race?", "luganda": "Bameka abeenyigira mu misinde egya mitta ekikumi?" }, { "english": "He is still greatly celebrated because of his achievements.", "luganda": "Akyajukirwa nnyo olw'ebintu bye yatuukako." }, { "english": "The most common sports game is football.", "luganda": "Omuzannyo ogukyasinze okwettanirwa gwe gw'omupiira gw'ebigere." }, { "english": "The old man's face is full of wrinkles.", "luganda": "Ffeesi y'omusajja omukadde ejjudde enkanyanya." }, { "english": "This poem was written by him.", "luganda": "Ye yawandiika ekitontome kino." }, { "english": "Which countries are allowed to participate in the Olympic games?", "luganda": "Nsi ki ezikkirizibwa okwenyigira mu mizannyo gya olimpiki?" }, { "english": "Why are athletic winners awarded medals?", "luganda": "Lwaki abawangula mu mizannyo baweebwa midaali?" }, { "english": "Do athletes feed on a special diet?", "luganda": "Bannabyamizannyo balya mmere ya njawulo?" }, { "english": "Regimes come and go.", "luganda": "Gavumenti zijja ne zigenda." }, { "english": "What should the Ministry of Education and Sports do to promote athletics in Uganda?", "luganda": "Ekitongole ky'eby'enjigiriza n'emizannyo kirina kukola ki okutumbula eby'emizannyo mu Uganda?" }, { "english": "What inspires people to plant trees?", "luganda": "Kiki ekikubiriza abantu okusimba emiti?" }, { "english": "What are some of the challenges affecting the economy of Uganda?", "luganda": "Okumu ku kusoomooza okwolekedde eby'enfuna bya Uganda kwe kuluwa?" }, { "english": "A number of Asians are operating businesses in Uganda.", "luganda": "Abantu bangi okuva mu Asiya bakola bizineesi mu Uganda." }, { "english": "He is an international musician.", "luganda": "Muyimbi wa nsi yonna." }, { "english": "What is your greatest achievement in life?", "luganda": "Kiki eky'amaanyi ky'okozeewo mu bulamu?" }, { "english": "How many professional boxers are in Uganda?", "luganda": "Abakubi b'ebikonde ab'ensi yonna bali bameka mu Uganda?" }, { "english": "He has won lots of medals over the years.", "luganda": "Awangudde emidaali mingi nnyo okumala emyaka mingi." }, { "english": "The dance performance excited the audience.", "luganda": "Amazina gaasanyusizza nnyo abantu." }, { "english": "A chess game is one of the popular games played all over the world.", "luganda": "Omuzannyo gw'omweso gwe gumu ku mizannyo abantu gye basinga okuzannya mu nsi yonna." }, { "english": "When does the Africa Cup of Nations take place?", "luganda": "Ekikopo ky'amawanga ga Afirika kibaawo ddi?" }, { "english": "I doubt if the team will make it to the finals.", "luganda": "Mbuusabuusa obanga ttiimu enneetuuka ku gy'akamalirizo." }, { "english": "What are the benefits of doing research?", "luganda": "Miganyulo ki egiri mu kukola okunoonyereza?" }, { "english": "The media plays a very important role in society.", "luganda": "Emikutu gy'amawulire gikola kinnene nnyo eri abantu." }, { "english": "The football match will be shown live on television.", "luganda": "Omuzannyo gw'omupiira gujja kulagibwa butereevu ku ttivi." }, { "english": "He rose up from his seat and left.", "luganda": "Yayimuka ku ntebe ye n'agenda." }, { "english": "How does age affect the performance of an athlete?", "luganda": "Okukula mu myaka kikosa kitya munnabyamizannyo?" }, { "english": "Some African countries did not send representatives to the Tokyo Olympics.", "luganda": "Ezimu ku nsi za Afirika tezaaweereza baazikiikirira mu olimpiki eyali e Tokyo." }, { "english": "She burnt all the clothes and pictures of her late husband.", "luganda": "Yayokya engoye zonna n'ebifaananyi bya bba omugenzi." }, { "english": "People that make world records are recognized worldwide.", "luganda": "Abantu abakola likodda y'ensi yonna bamanyika mu nsi yonna." }, { "english": "Some roads were named after people.", "luganda": "Amakubo agamu gaatuumibwa mannya ga bantu." }, { "english": "He was promoted to the highest rank in the police.", "luganda": "Yakuzibwa n'atuuka ku ddaala erisingayo okuba erya waggulu mu poliisi." }, { "english": "He is the most popular politician.", "luganda": "Ye munnabyabufuzi asinga okumanyika." }, { "english": "She was hired to make an advert on behalf of the company.", "luganda": "Yapangisibwa okukubira kampuni obulango." }, { "english": "What is your home district?", "luganda": "Ozaalibwa mu disitulikiti ki?" }, { "english": "Pupils who passed the primary seven Uganda National Examinations are eligible to join secondary school.", "luganda": "Abaana abaayita ebigezo by'ekibiina eky'omusanvu eby'akamalirizo basobola okugenda mu siniya." }, { "english": "Some orphans are educated by friends and relatives of the deceased.", "luganda": "Bamulekwa abamu basomesebwa ab'emikwano n'ab'enganda z'omugenzi." }, { "english": "What qualifications does one need to join the police force?", "luganda": "Bisaanyizo ki omuntu by'alina okuba nabyo okuyingira poliisi?" }, { "english": "Is it possible that some people are not talented at all?", "luganda": "Kisoboka okuba nti abantu abamu tebalina bitone wadde." }, { "english": "The main referral hospital in Uganda is located in Kampala.", "luganda": "Eddwaliro ekkulu okusinga gonna mu Uganda liri mu Kampala." }, { "english": "Her mother encouraged her to first finish school.", "luganda": "Maama we yamukubiriza asooke amalirize okusoma." }, { "english": "Employees of certain organizations must be in uniform while on duty.", "luganda": "Abakozi b'ebitongole ebimu balina kuba mu yunifoomu nga bali ku mirimu." }, { "english": "When will the Commonwealth games be held?", "luganda": "Emizannyo gy'amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza ginnaabaawo ddi?" }, { "english": "She wants to brighten the color of her teeth.", "luganda": "Ayagala amannyo ge gatukule nnyo." }, { "english": "What is the purpose of a coach on a team?", "luganda": "Omutendesi aba na mugaso ki mu ttiimu?" }, { "english": "Everyone is good at something you just have to discover where your potential lies.", "luganda": "Buli muntu abaako ekintu ky'akola obulungi olina okuzzuula ky'osobola okukola obulungi." }, { "english": "What is the purpose of carrying out political campaigns?", "luganda": "Kigendererwa ki ekiri mu kukuba kampeyini z'eby'obufuzi?" }, { "english": "How big is the national stadium in Uganda?", "luganda": "Ekisaawe ky'omupiira ekya Uganda kyenkana kitya obunnene?" }, { "english": "We managed to solve our family disputes.", "luganda": "Twasobola okugonjoola ennyombo ezaali mu maka gaffe." }, { "english": "What kind of treatment is given to someone beat by a poisonous snake?", "luganda": "Omuntu aba abojjeddwa omusota ogw'obusagwa aweebwa bujjanjabi ki?" }, { "english": "Everyone was silent when he was giving his speech.", "luganda": "Buli omu yasirika bwe yali awa okwogera kwe." }, { "english": "Only twenty people were invited to the wedding ceremony.", "luganda": "Abantu amakumi abiri bokka be baayitibwa ku mukolo gw'embagga ye." }, { "english": "Some people afford to smile even when they are in pain.", "luganda": "Abantu abamu basobola okumwenya ne bwe baba mu bulumi." }, { "english": "She said that he was not her boyfriend.", "luganda": "Yagamba nti teyali muganzi we." }, { "english": "In every competition we expect to have only one winner.", "luganda": "Mu buli mpaka tusuubira okuba n'omuwanguzi omu." }, { "english": "Some of the invited guests did not turn up at the function.", "luganda": "Abamu ku bagenyi abayite tebajja ku mukolo." }, { "english": "Jogging helps us cut down some fat in the body.", "luganda": "Okudduka kituyamba okusala ku masavu ge tuba nago mu mubiri." }, { "english": "Through practice people are able to sharpen their skills.", "luganda": "Abantu beeyongera okukuguka bwe beegezaamu." }, { "english": "My mother is good at keeping secrets.", "luganda": "Maama wange amanyi okukuuma ebyama." }, { "english": "The school awarded a scholarship to the best student.", "luganda": "Essomero lyawa sikaala omuyizi eyasinga okukola obulungi." }, { "english": "Why is it that some people sweat a lot during the hot season?", "luganda": "Lwaki abantu abamu batuyaana nnyo mu budde obw'ebbugumu?" }, { "english": "She accidentally cut her finger while she was peeling.", "luganda": "Yeesala mu butanwa bwe yali awaata." }, { "english": "In the past our parents would use their hands to remove loose teeth.", "luganda": "Edda bazadde baffe bakozesanga ngalo zaabwe okukuula erinnyo erinnyennya." }, { "english": "The scouts and girl guides went camping.", "luganda": "Abasikawutu abawala n'abalenzi baagenda mu lusiisira." }, { "english": "Some parts of the body are stitched after medical surgery.", "luganda": "Ebitundu by'omubiri ebimu bitungibwa oluvannyuma lw'okulongosebwa." }, { "english": "He concentrated on his studies and passed with good grades.", "luganda": "Yassaayo omwoyo ku misomo gye n'ayitira mu ddaala eddungi." }, { "english": "She remembers every detail about her childhood.", "luganda": "Ajjukira buli kintu ekikwata ku biseera by'obuto bwe." }, { "english": "Majority of the people use their right hand to write", "luganda": "Abantu abasinga obungi bakozesa emikono gyabwe egya ddyo okuwandiika." }, { "english": "What does is it take to be a winner?", "luganda": "Kyetaagisa ki okuba omuwanguzi?" }, { "english": "In the race everyone was supposed to run within their lane.", "luganda": "Mu misinde buli omu yalina okuddukira mu kifo kye." }, { "english": "He was in the second position according to the academic report.", "luganda": "Yali mu kifo kyakubiri okusinziira ku alipoota y'essomero." }, { "english": "Only the best three in the race were awarded medals.", "luganda": "Abasatu abaasinga okukola obulungi mu misinde be bokka abaweebwa emidaali." }, { "english": "The police told her to describe the appearance of the lost child.", "luganda": "Poliisi yamugamba attottole endabika y'omwana eyabula." }, { "english": "His dress code was very impressive.", "luganda": "Ennyambala ye yali mpitirivu obulungi." }, { "english": "Victory goes to the one who wins the battle.", "luganda": "Obuwanguzi buba bw'oyo awangula olutalo." }, { "english": "She was the last in the race.", "luganda": "Ye yakwebera mu misinde." }, { "english": "Do you know how to play rugby?", "luganda": "Omanyi okuzannya omuzannyo gwa ragibe?" }, { "english": "What are the benefits of competition in business?", "luganda": "Miganyulo ki egiri mu kuvuganya mu bizineesi?" }, { "english": "She kept receiving threats from her husband after the divorce.", "luganda": "Yafunanga okutiisibwatiisibwa okuva eri bba oluvannyuma lw'okugattululwa." }, { "english": "He withdrew some money from his bank account.", "luganda": "Yaggyayo ssente ezimu ku akawunta ye eya bbanka." }, { "english": "We arrived when the bride and groom had finished exchanging the vows.", "luganda": "Twatuuka ng'omugole omusajja n'omukazi bamaze okukuba ebirayiro." }, { "english": "We watch movies at night.", "luganda": "Tulaba ffirimu ekiro." }, { "english": "She contested for miss Uganda in two thousand eighteen.", "luganda": "Yavuganya ku kya nnalulungi wa Uganda mu nkumi bbiri mu kkumi na munaana." }, { "english": "We cannot change anything about our past.", "luganda": "Tetuyinza kukyusa kintu kyonna kye twayitamu edda." }, { "english": "A number of successful people have failed before.", "luganda": "Si gwe mulundi ogusoose abantu abaali babaddeko obulungi okugwa." }, { "english": "Some people have acquired wealth from participating in athletics.", "luganda": "Abantu abamu bafunye eby'obugagga olw'okwenyigira mu by'emizannyo." }, { "english": "Her health gradually declined as she aged.", "luganda": "Obulamu bwe bwagenda bwonooneka bwe yagenda akula." }, { "english": "She finds it hard to acknowledge defeat.", "luganda": "Kimuzibuwalira okukkiriza okuwangulwa." }, { "english": "Street lights were placed alongside the road.", "luganda": "Amataala g'oku kkubo gaateekebwa ku mabbali g'ekkubo." }, { "english": "He was unhappy because his football team lost the match.", "luganda": "Teyali musanyufu olw'okuba ttiimu ye ey'omupiira gw'ebigere yawangulwa." }, { "english": "She is excited about her wedding.", "luganda": "Musanyufu nnyo olw'embagga ye." }, { "english": "Some people blame the government for the poverty in the country.", "luganda": "Abantu abamu banenya gavumenti olw'obwavu obuli mu ggwanga." }, { "english": "Who are some of the national heroes you know?", "luganda": "Abamu ku bazira b'eggwanga b'omanyi be baluwa?" }, { "english": "She quit her job last year.", "luganda": "Yalekulira omulimu gwe omwaka oguwedde." }, { "english": "His interview was scheduled for ten o'clock in the morning.", "luganda": "Okubuuzibwa kwe ebibuuzo kwali kwa ssaawa nnya ez'oku makya." }, { "english": "Both husband and wife work in the same business.", "luganda": "Omwami n'omukyala bombi bakola bizineesi y'emu." }, { "english": "Of what benefit is the constitution to the country.", "luganda": "Ssemateeka wa muganyulo ki eri eggwanga?" }, { "english": "How much money was allocated to the sports ministry?", "luganda": "Ssente mmekka ezaaweebwa minisitule y'eby'emizannyo?" }, { "english": "People want to invest in profitable businesses.", "luganda": "Abantu baagala okuteeka ssente zaabwe mu bizineesi ezireeta amagoba." }, { "english": "What are the benefits of practicing democracy in the country?", "luganda": "Miganyulo ki egiri mu kuba ne demokulasiya mu ggwanga?" }, { "english": "Scientific wedding ceremonies are less costly.", "luganda": "Embagga eza sayansi tezitwala ssente nnyingi nnyo." }, { "english": "His children do not show him any respect.", "luganda": "Abaana be tebamussaamu kitiibwa kyonna." }, { "english": "President delegates government officials to execute tasks on his behalf.", "luganda": "Pulezidenti awa abakungu ba gavumenti obuvunaanyizibwa okukola ebintu ku lulwe." }, { "english": "He comes from the Northern part of Uganda.", "luganda": "Ava mu kitundu eky'Ebukiikakkono bwa Uganda." }, { "english": "Some people did not qualify to participate in the Tokyo Olympics.", "luganda": "Abantu abamu tebaayitawo okwenyigira mu olimpiki eyali mu Tokyo." }, { "english": "Musicians can easily become famous.", "luganda": "Abayimbi kibanguyira okuba ab'ettuttumu." }, { "english": "What inspired you to join politics?", "luganda": "Kiki ekyakusikiriza okuyingira eby'obufuzi?" }, { "english": "She does most of her work while sitting.", "luganda": "Emirimu gye egisinga obungi agikola atudde." }, { "english": "After his wife died he married another woman.", "luganda": "Oluvannyuma lwa mukazi we okufa yawasa omukazi omulala." }, { "english": "He has been ill for over five years.", "luganda": "Abadde mulwadde okumala emyaka egisukka mu ettaano." }, { "english": "A person with weak immunity can easily fall sick.", "luganda": "Omuntu alina omubiri omunafu asobola okufuna mangu obulwadde." }, { "english": "Some illnesses can result into death.", "luganda": "Obulwadde obumu busobola okuviirako okufa." }, { "english": "Why is male circumcision important?", "luganda": "Lwaki kikulu abasajja okukomolebwa?" }, { "english": "What makes you happy?", "luganda": "Kiki ekikusanyusa?" }, { "english": "University students are old enough to make personal decisions.", "luganda": "Abayizi ba yunivasite bakulu ekimala okusobola okwesalirawo." }, { "english": "The general elections are carried out in Uganda every after a period of five years.", "luganda": "Okulonda kwa bonna kubaawo mu Uganda buli luvannyuma lw'ekiseera kya myaka ettaano." }, { "english": "What kind of cases are taken to the High court?", "luganda": "Misango gya ngeri egitwalibwa mu kkooti enkulu?" }, { "english": "It is against the law to breach the terms of a contract.", "luganda": "Kimenya mateeka okutyoboola kuntulakita." }, { "english": "Public campaigns were not carried out because of the ban on public gatherings during the pandemic.", "luganda": "Kampeyini tezaakubibwa olw'okuba enkungaana zaawerebwa mu kiseera ky'ekirwadde." }, { "english": "What are the conditions for one to contest as a presidential candidate?", "luganda": "Bisaanyizo ki omuntu by'alina okuba nabyo okwesimbawo okuvuganya ku kifo kya pulezidenti?" }, { "english": "She believes that her husband is innocent of the crime.", "luganda": "Akikkiriza nti omwami we talina musango." }, { "english": "What kind of penalty is given to murderers?", "luganda": "Kibonerezo kya ngeri ki ekiweebwa abatemu?" }, { "english": "I mix honey in my milk tea instead of sugar.", "luganda": "Mu kyaayi wange ow'amata nteekamu mubisi gwa njuki mu kifo kya sukaali." }, { "english": "Some football players have fans all over the world.", "luganda": "Abamu ku bazannyi b'omupiira gw'ebigere balina abawagizi okwetooloola ensi yonna." }, { "english": "He is working hard in order to get the best score in the test.", "luganda": "Akola nnyo asobole okufuna obubonero obusingayo obulungi mu kigezo." }, { "english": "The campaign season was very frustrating.", "luganda": "Ekiseera kya kampeyini kyalimu ebinyiiza bingi." }, { "english": "Parents financially contributed to the construction of the school chapel.", "luganda": "Abazadde baasonda ssente ez'okuzimba ekisenge eky'okusabiramu ku ssomero." }, { "english": "She is looking forward to getting a new job next month.", "luganda": "Yeesunga okufuna omulimu omupya omwezi ogujja." }, { "english": "How many sides do dice have?", "luganda": "Empiki ya dayisi eba n'enjuyi mmeka?" }, { "english": "I am not a fan of football.", "luganda": "Siri muwagizi w'akapiira k'ebigere." }, { "english": "She is a former student of the school.", "luganda": "Yaliko omuyizi w'esomero eryo." }, { "english": "Any player can score a goal during the match.", "luganda": "Omuzannyi yenna asobola okuteeba ggoolo mu muzannyo." }, { "english": "What causes high blood pressure in people?", "luganda": "Kiki ekireetera abantu okuba n'obulwadde bw'entunuusi?" }, { "english": "Different organizations have come up to advocate for gender equality.", "luganda": "Ebibiina ebitali bimu bivuddeyo okwogerera omwenkanonkano." }, { "english": "When is a penalty offered during the football match?", "luganda": "Ddi pena lw'ekubwa mu muzannyo gw'omupiira gw'ebigere?" }, { "english": "Smoking cigarettes is dangerous because it affects the lungs.", "luganda": "Kyakabi okufuweeta ssigala kubanga kikosa amawugwe." }, { "english": "What is the use of a referee in a football match?", "luganda": "Ddiifiri aba na mulimu ki mu muzannyo gw'omupiira gw'ebigere?" }, { "english": "It is human to make mistakes.", "luganda": "Kya buntu okukola ensobi." }, { "english": "Racism and discrimination hinder unity in society.", "luganda": "Obusosoze mu langi n'okuboola abalala kiremesa obumu okubaawo mu bantu." }, { "english": "Everything was explained in the video.", "luganda": "Buli kimu kyannyonnyolebwa mu vidiyo." }, { "english": "He has not eaten food for two days now.", "luganda": "Amaze ennaku bbiri nga talya mmere." }, { "english": "Some women can play football.", "luganda": "Abakazi abamu basobola okuzannya omupiira gw'ebigere." }, { "english": "The prevalence of coronavirus has changed people's ways of living.", "luganda": "Okubeerawo kw'ekirwadde kya korona kikyusizza embeera y'obulamu bw'abantu." }, { "english": "She has a master's degree in Business Administration.", "luganda": "Alina ddiiguli eya masita mu nzirukanya ya bizineesi." }, { "english": "He usually invites women to visit him at his home.", "luganda": "Atera okuyita abakazi okumukyalira ewuwe." }, { "english": "What are some of the countries that implemented the lockdown to curb the spread of the virus?", "luganda": "Ezimu ku nsi ezaassaawo omuggalo okusobola okutangira okusaasaana kw'ekirwadde ze ziruwa?" }, { "english": "She is the best fit for modeling.", "luganda": "Y'asaanira okukola eby'okwewunda." }, { "english": "The government distributed free mosquito nets to the public.", "luganda": "Gavumenti yagabira abantu obutimba bw'ensiri ku bwereere." }, { "english": "Since he had plenty of food during the lockdown he gave out some to the needy.", "luganda": "Okuva bwe yalina emmere nnyingi mu kiseera ky'omuggalo emu yagigabirako abaavu." }, { "english": "Her parents denied her the opportunity of going to school.", "luganda": "Bazadde be tebaamuwa kakisa ka kusoma." }, { "english": "She despised him because of his appearance.", "luganda": "Yamuyisaamu amaaso olw'endabika ye." }, { "english": "The pair of shoes was properly wrapped in the box.", "luganda": "Omugoggo gw'engatto gwasabikibwa bulungi mu ssanduuko." }, { "english": "He had to pay a fine for violating traffic rules.", "luganda": "Yalina okusasula engasi olw'okumenya amateeka g'ebidduka." }, { "english": "European countries have promoted football at an international level.", "luganda": "Ensi z'abazungu zitumbudde omuzannyo gw'omupiira gw'ebigere ku ddaala ly'ensi yonna." }, { "english": "Eating a balanced diet helps in keeping our bodies healthy.", "luganda": "Okulya emmere erimu ekiriisa kiyamba emibiri gyaffe okuba emiramu obulungi." }, { "english": "We believe that the pandemic will at one time cease to exist in the community.", "luganda": "Tukikkiriza nti olumu ekirwadde kijja kuvaawo mu bantu." }, { "english": "How has the World Health Organization helped nations in fighting coronavirus?", "luganda": "Ekibiina ky'ensi yonna eky'eby'obulamu kiyambye kitya amawanga okulwanyisa ekirwadde kya korona?" }, { "english": "It is said that there are different waves of coronavirus.", "luganda": "Kigambibwa nti ekirwadde kya korona kiri mu mitendera egitali gimu." }, { "english": "During the lockdown everyone was required to stay at home.", "luganda": "Mu kiseera ky'omuggalo buli omu kyali kimwetaagisa okubeera awaka." }, { "english": "When the coronavirus cases go down the lockdown is lifted.", "luganda": "Omuwendo gw'abakwatibwa ekirwadde kya korona bwe gukendeera omuggalo nga guggyibwawo." }, { "english": "Uganda is recovering from the second wave of coronavirus.", "luganda": "Uganda etandise okwebbulula okuva ku kirwadde kya korona eky'omulundi ogw'okubiri." }, { "english": "She enjoys eating irish potatoes.", "luganda": "Awomerwa okulya obumonde obuzungu." }, { "english": "Leaders must be careful when making decisions that affect the general public.", "luganda": "Abakulembeze balina okwegendereza nga basalawo ebyo ebikwata ku bantu bonna." }, { "english": "He surprisingly won the elections.", "luganda": "Yeewuunyisa okuwangula okulonda." }, { "english": "Everyone praises her beauty.", "luganda": "Buli muntu atendereza obulungi bwe." }, { "english": "There was an outbreak of coronavirus in two thousand nineteen.", "luganda": "Mu nkumi bbiri mu kkumi na mwenda waabalukawo ekirwadde kya korona." }, { "english": "Can animals get coronavirus?", "luganda": "Ebisolo bisobola okufuna ekirwadde kya korona?" }, { "english": "He is a basketball player.", "luganda": "Muzannyi w'omupiira gw'ensero." }, { "english": "How did coronavirus manage to spread all over the world?", "luganda": "Ekirwadde kya korona kyasobola kitya okusaasaana mu nsi yonna?" }, { "english": "We split the jackfruit and shared it amongst ourselves.", "luganda": "Twasala ffenne ne tumwegabanya." }, { "english": "Due to the pandemic players played the game without spectators in the stadium.", "luganda": "Olw'ekirwadde abazannyi baazanyanga nga tewali balabi mu kisaawe." }, { "english": "A basketball team has five players.", "luganda": "Ttiimu y'omupiira gw'ensero ebaamu abazannyi bataano." }, { "english": "I enjoy watching basketball matches.", "luganda": "Nnyumirwa okulaba omuzannyo gw'omupiira gw'ensero." }, { "english": "She organized a party to celebrate her graduation.", "luganda": "Yakola akabaga okujjaguza amattikira ge." }, { "english": "Do you think wearing masks might have negative effects on our health?", "luganda": "Olowooza okwambala masiki kiyinza okuba eky'obulabe eri obulamu bwaffe?" }, { "english": "We did the examination under remote invigilation.", "luganda": "Twakola ebigezo naye ng'abatulabirira tebali awo naffe." }, { "english": "Coronavirus has killed a number of people all over the world.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kisse abantu bangi mu nsi yonna." }, { "english": "The conference was scheduled to take place for one week only.", "luganda": "Olukungaana lwategekebwa nga lwa kumala wiiki emu yokka." }, { "english": "The outbreak of coronavirus was unexpected.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kyali tekisuubirwa kubalukawo." }, { "english": "Some people rear monkeys at home.", "luganda": "Abantu abamu balunda enkima mu maka gaabwe." }, { "english": "The Tokyo Olympics were carried out amidst the pandemic.", "luganda": "Emizannyo gya Olimpiki egyali mu Tokyo gyaliwo wakati mu kirwadde." }, { "english": "China had the first coronavirus patients in the whole world.", "luganda": "China ye yasooka okubaamu omulwadde w'ekirwadde kya korona mu nsi yonna." }, { "english": "He invested additional capital of one million Ugandan shillings in his business.", "luganda": "Mu bizineesi ye yayongeramu akakadde kamu ak'ensimbi za Uganda." }, { "english": "The community has been sensitized against the effects of coronavirus.", "luganda": "Abantu basomeseddwa ku ebyo ebireetebwa ekirwadde kya korona." }, { "english": "China is one of the densely populated countries.", "luganda": "China y'emu ku nsi ezisinga okubaamu abantu abangi." }, { "english": "He was knocked down by a car while riding a bicycle.", "luganda": "Emmotoka yamutomera ng'avuga akagaali." }, { "english": "Accidents occur on the road because of careless road users.", "luganda": "Obubenje bubaawo ku makubo olw'obulagajavu bw'abo abakozesa amakubo." }, { "english": "Medical surgeries are usually expensive.", "luganda": "Kitwala ssente nnyingi okulongoosebwa." }, { "english": "The hospital is responsible for every admitted patient.", "luganda": "Eddwaliro livunaanyizibwa ku mulwadde yenna aba aweereddwa ekitanda." }, { "english": "What is the use of ventilators in a house?", "luganda": "Obumooli bulina mugaso ki ku nnyumba?" }, { "english": "The old man is mentally unstable.", "luganda": "Omusajja omukadde omutwe gwe tegukola bulungi." }, { "english": "Some devil worshippers awaken the spirits of the dead.", "luganda": "Abantu abamu abasinza badayimooni bazukusa emyoyo gy'abafu." }, { "english": "Overspeeding is one of the causes of accidents on the road.", "luganda": "Okuvuga endiima kye kimu ku biviirako obubenje ku makubo." }, { "english": "He uses his hand bike as a means of transport.", "luganda": "Akozesa akagaali ke mu by'entambula." }, { "english": "At what time is the sports news shown on television?", "luganda": "Amawulire g'eby'eimizannyo gabaako ssaawa mmeka ku ttivi?" }, { "english": "He is a wonderful drama actor.", "luganda": "Azannya bulungi nnyo emizannyo." }, { "english": "She promised herself not to trust anyone again.", "luganda": "Yagamba nti takyaddamu kwesiga muntu yenna." }, { "english": "He composes and writes his own songs.", "luganda": "Ayiiya era ne yeewandiikira ennyimba ze." }, { "english": "Winners never give up.", "luganda": "Abawanguzi tebalekulira." }, { "english": "The brothers were fighting over their inheritance.", "luganda": "Ab'oluganda baali balwanira eby'obusika bwabwe." }, { "english": "He is too weak to fight anyone.", "luganda": "Talina maanyi ga kulwana na muntu yenna." }, { "english": "Which social media platforms do you use?", "luganda": "Mukuttu ki omugattabantu gw'okozesa?" }, { "english": "How many athletes participated in the community marathon?", "luganda": "Abaddusi bameka abeenyigira mu mbiro?" }, { "english": "He was arrested for driving while drunk.", "luganda": "Yakwatibwa olw'okuvuga ng'atamidde." }, { "english": "Some people chose to take on sports as a career.", "luganda": "Abantu abamu basalawo okutwala eby'emizannyo okuba omulimu." }, { "english": "The tour vehicles transport tourists from one place to another.", "luganda": "Emmotoka ezikozesebwa mu kulambula zitwala abalambuzi okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala." }, { "english": "A number of girls competed for the beauty queen crown.", "luganda": "Abawala abawerako baavuganya ku ngule ya nnalulungi." }, { "english": "The Tokyo Olympic games were originally scheduled to take place in two thousand twenty.", "luganda": "Emizannyo gya olimpiki gyali gitegekeddwa okubaawo mu nkumi bbiri mu abiri." }, { "english": "She enjoys watching movies during her leisure time.", "luganda": "Anyumirwa okulaba ffirimu mu biseera bye eby'eddembe." }, { "english": "Winning a world championship is considered the highest achievement for a player or participant.", "luganda": "Okuwangula empaka ez'ensi yonna kitwalibwa okuba ekintu ekisingayo okuba ekya waggulu omuzannyi yenna ky'aba atuuseeko." }, { "english": "He has inspired youths to actively engage in politics.", "luganda": "Aleetedde abavubuka okwenyigira ennyo mu by'obufuzi." }, { "english": "World widely people can interact via social media.", "luganda": "Mu nsi yonna abantu basobola okwogera n'abalala okuyitira ku mikutu emigattabantu." }, { "english": "Drivers should be mindful of other road users.", "luganda": "Ba dereeva balina okufaayo ku balala abakozesa ekkubo." }, { "english": "She got a serious injury during the match.", "luganda": "Yafuna ebisago bya maanyi mu muzannyo." }, { "english": "How often are world championships held?", "luganda": "Empaka ez'ensi yonna zibaawo buli ddi?" }, { "english": "He went back to his home immediately when the lockdown was lifted.", "luganda": "Yaddawo ewuwe amangu ddala ng'omuggalo gwakaggyibwawo." }, { "english": "She is very passionate about playing basketball.", "luganda": "Ayagala nnyo okuzannya omupiira gw'ensero." }, { "english": "We sold our car and bought a new one.", "luganda": "Twatunda emmotoka yaffe ne tugula empya." }, { "english": "What is the purpose of celebrating Father's Day?", "luganda": "Kigendererwa ki ekiri mu kukuza olunaku lwa ba taata?" }, { "english": "Fathers should be a good example to their sons.", "luganda": "Ba taata balina okuteerawo batabani baabwe ekyokulabirako ekirungi." }, { "english": "Fathers are the heads of a family.", "luganda": "Ba taata gye mitwe gy'amaka." }, { "english": "What roles are played by a father in a home?", "luganda": "Taata aba na mulimu ki awaka?" }, { "english": "A number of children have grown up without fathers.", "luganda": "Abaana abangi tebakuze na bakitaabwe." }, { "english": "The Bible gives basic guidelines about life.", "luganda": "Bayibuli ewa obulagirizi ku bulamu." }, { "english": "Her father died when she was still young.", "luganda": "Kitaawe yafa ng'akyali muto." }, { "english": "Single mothers play both the role of a mother and father in the lives of their children.", "luganda": "Ba maama abali obwannamunigina bazannya ekifo kya maama ne taata mu balamu bw'abaana baabwe." }, { "english": "Some men do not want to take up the responsibility of being a father.", "luganda": "Abasajja abamu tebaagala kutuukiriza buvunaanyizibwa bw'okuba taata." }, { "english": "Some fathers hardly have any time for their children.", "luganda": "Ba taata abamu tebalina budde bwonna bwe bawaayo eri abaana baabwe." }, { "english": "She is proud of her father.", "luganda": "Yeenyumirizza nnyo mu kitaawe." }, { "english": "How does Uganda benefit from hosting refugees?", "luganda": "Uganda eganyulwa etya mu kubuddamya abanoonyi b'obubudamo?" }, { "english": "People in refugee camps were also attacked by coronavirus.", "luganda": "Abantu abali mu nkambi z'abanoonyi b'obubudamo nabo baalumbibwa ekirwadde kya korona." }, { "english": "What rights are refugees entitled to in the country?", "luganda": "Ddembe ki abanoonyi b'obubudamo lye baba nalyo mu ggwanga?" }, { "english": "The government provides services to people irrespective of their tribes gender and religion.", "luganda": "Gavumenti ettuusa ku bantu bye beetaaga awatali kusosola mu ggwanga kikula oba ddiini." }, { "english": "We can prevent diseases by eat maintaining proper hygiene and eating well.", "luganda": "Tusobola okwetangira endwadde nga tuba bayonjo era nga tulya bulungi." }, { "english": "He partnered with his friend to start a business.", "luganda": "Yeegatta ne mukwano ggwe ne batandikawo bizineesi." }, { "english": "Refugees across the country have greatly felt the effects of the lockdown.", "luganda": "Abanoonyi b'obubudamo okwetooloola eggwanga lyonna baakosebwa nnyo omuggalo." }, { "english": "What are some of the challenges faced by refugees in the country?", "luganda": "Okumu ku kusoomooza abanoonyi b'obubudamo kwe boolekaganye nakwo mu ggwanga kwe kuluwa?" }, { "english": "Most refugees come from war-torn countries.", "luganda": "Abanoonyi b'obubudamo abasinga obungi bava mu nsi ezirimu entalo." }, { "english": "Different donations are made to support the refugees.", "luganda": "Obuyambi obutali bumu buweebwayo okuyamba abanoonyi b'obubudamo." }, { "english": "There are many refugees from the Democratic Republic of Congo and South Sudan.", "luganda": "Waliwo abanoonyi b'obubudamo bangi okuva mu Congo ne South Sudan." }, { "english": "There are many Asian foreigners in Uganda.", "luganda": "Mu Uganda mulimu abagwira bangi okuva mu Asiya." }, { "english": "The team that won the match got a trophy.", "luganda": "Ttiimu eyawangula omuzannyo yafuna ekikopo." }, { "english": "Seasons come and go.", "luganda": "Sizoni zijja ne zigenda." }, { "english": "It is possible to score very many goals in a basketball match.", "luganda": "Kyangu okuteeba ggoolo nnyingi nnyo mu mpaka z'omupiira gw'ensero." }, { "english": "She records most of the things that happen to her in a diary.", "luganda": "Awandiika mu katabo ke ebintu ebisinga obungi ebimutuukako." }, { "english": "Since she was the last she was requested to repeat the class.", "luganda": "Okuva bwe kiri nti ye yakwebera yasabibwa okuddamu ekibiina." }, { "english": "Football is the most common sport in Europe.", "luganda": "Omupiira gw'ebigere gwe muzannyo ogusinga okwagalibwa mu Bulaaya." }, { "english": "Coronavirus has been common among elderly people in society.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kikosezza nnyo abantu abakadde mu kitundu." }, { "english": "Her work contract has been renewed.", "luganda": "Kontulakita ye ey'omulimu ezziddwa bujja." }, { "english": "She went to the American embassy to do a visa interview.", "luganda": "Yagenda ku kitebe kya America okubuuzibwa ebibuuzo ebikwata ku viza." }, { "english": "Under what conditions can a contract be terminated?", "luganda": "Kiki ekiyinza okuviirako kontulakita okusazibwamu?" }, { "english": "How much is a flight ticket from Uganda to the United States?", "luganda": "Tikiti y'ennyonyi okuva mu Uganda okugenda mu America ya ssente mmeka?" }, { "english": "What are some of the problems associated with hosting refugees in the country?", "luganda": "Ebimu ku bizibu ebiri mu kubuddamya abanoonyi b'obubudamo mu ggwanga bye biruwa?" }, { "english": "Most refugees stay in camps.", "luganda": "Abanoonyi b'obubudamo abasinga obungi babeera mu nkambi." }, { "english": "Bureaucracy is indispensable in government organizations.", "luganda": "Mu bitongole bya gavumenti mubaamu okwetooloola kungi." }, { "english": "When is World Refugee Day?", "luganda": "Olunaku lw'abanoonyi b'obubudamo mu nsi yonna lubaawo ddi?" }, { "english": "The United Nations has offered tremendous assistance to Uganda.", "luganda": "Ekibiina ky'amawanga amagatte kiwadde Uganda obuyambi bungi nnyo." }, { "english": "Respect yourself and others will also respect you.", "luganda": "Bwe weewa ekitiibwa n'abalala bajja kikuwa." }, { "english": "Shelter is one of the basic human needs.", "luganda": "Ekimu ku byetaago by'omuntu ebisinga obukulu kwe kuba n'aw'okusula." }, { "english": "What role do local leaders play in society?", "luganda": "Abakulembe mu byalo baba na mulimu ki?" }, { "english": "Conflict civil wars natural calamities have caused people to move to new places.", "luganda": "Ennyombo entalo ez'omunda n'ebizibu by'obutonde bireetedde abantu okusengukira mu bifo ebipya." }, { "english": "What does a team need to qualify for the Champions League?", "luganda": "Kiki ttiimu ky'erina okukola okusobola okuyitawo okuzannya liigi ya bannantammegwa?" }, { "english": "Coronavirus spread to other countries in two thousand twenty.", "luganda": "Ekirwadde kya korona kyasaasaanira mu nsi endala mu nkumi bbiri mu abiri." }, { "english": "He screamed out of joy when his team won the match.", "luganda": "Yakuba enduulu olw'essanyu ttiimu ye bwe yawangula omuzannyo." }, { "english": "Why was oxygen used to treat coronavirus patients?", "luganda": "Lwaki omukka gwa okisijeeni gwakozesebwa okujjanjaba abalwadde b'ekirwadde kya korona?" }, { "english": "The death of her baby frustrated her a lot.", "luganda": "Okufa kw'omwana we omuwere kwamutabula nnyo." }, { "english": "Adopting to the winter season was a very big challenge for him.", "luganda": "Kyamukaluubiriza nnyo okumanyiira sizoni ey'obunyogovu." }, { "english": "The guests departed from the venue at ten o'clock in the night.", "luganda": "Abagenyi baava mu kifo ku ssaawa nya ez'ekiro." }, { "english": "How big is a standard football pitch?", "luganda": "Ekisaawe ky'omupiira gw'ebigere ekituufu kirina kuba nga kyenkana kitya obunene?" }, { "english": "She attempted to take alcohol and vomited.", "luganda": "Yagezaako okunywa omwenge n'asesema." }, { "english": "Her son insulted her in public.", "luganda": "Mutabani we yamuvumira mu lujjudde." }, { "english": "With deep humility he apologized for all he had done.", "luganda": "N'obuwombeefu bungi yeetonda olw'ebyo byonna bye yali akoze." }, { "english": "He said ill words to his wife.", "luganda": "Yagamba mukazi ebigambo ebibi." }, { "english": "Hanging around criminals could bring you trouble.", "luganda": "Okutambula n'abamenyi b'amateeka kiyinza okukuviirako ebizibu." }, { "english": "The football players are already on the pitch waiting for the referee to start the match.", "luganda": "Abazannyi b'omupiira gw'ebigere baatuuse dda mu kisaawe balindirira ddiifiiri atandike omuzannyo." }, { "english": "He became popular for scoring many goals during the match.", "luganda": "Yamanyika nnyo olw'okuteeba ggoolo nnyingi mu muzannyo." }, { "english": "What countries qualify to play in the Europa League?", "luganda": "Nsi ki ezirina ebisaanyizo by'okuzannyira mu liigi ya Europa?" }, { "english": "Unfortunately the team he was supporting lost the match.", "luganda": "Eky'omukisa omubi ttiimu gye yali awagira yawangulwa mu muzannyo." }, { "english": "He was looking good in the jean trousers.", "luganda": "Yali alabika bulungi mu mpale eya jiini." }, { "english": "As a way of killing boredom sometimes I play games on my phone.", "luganda": "Mu ngeri y'okwemalako ekiwuubaalo oluusi nzannya emizannyo ku ssimu yange." }, { "english": "There were very many participants in the singing competitions.", "luganda": "Waaliwo abantu bangi nnyo abeenyigira mu mpaka z'okuyimba." }, { "english": "How are basketball points counted?", "luganda": "Obubonero bw'omupiira gw'ensero bubalibwa butya?" }, { "english": "How long does a football match last?", "luganda": "Omuzannyo gw'omupiira gw'ebigere gumala bbanga ki?" }, { "english": "The team scored no goal in the first half of the match.", "luganda": "Ttiimu teyateeba ggoolo yonna mu kitundu ekisooka eky'omuzannyo." }, { "english": "The electrician successfully climbed the electric pole.", "luganda": "Ow'amasanyalaze yasobola okulinya omuti gw'amasanyalaze." }, { "english": "She was given a six months maternity leave from work.", "luganda": "Yaweebwa emyezi mukaaga egy'okuwummulamu oluvannyuma lw'okuzaala." }, { "english": "It is strange to fall in love at a very young age.", "luganda": "Si kirungi okutandika okukwana ng'okyali muto nnyo." }, { "english": "Sports players dedicate adequate time to prepare for the match.", "luganda": "Bannamizannyo bawaayo obudde bungi okwetegekera omuzannyo." }, { "english": "When is the next Champions League?", "luganda": "Ddi liigi ya bannantammegwa eddako lw'enneebaawo?" }, { "english": "Victims of coronavirus should not be allowed to mix with those who are not.", "luganda": "Abalwadde b'ekirwadde kya korona tebalina kukkirizibwa kubeera wamu n'abatali balwadde." }, { "english": "Let us avoid discriminating others.", "luganda": "Ka twewale okuboola abalala." }, { "english": "The trip around the country will take three days.", "luganda": "Olugendo okwetooloola eggwanga lyonna lujja kutwala ennaku ssatu." }, { "english": "The winner was crowned as the new miss Uganda.", "luganda": "Omuwanguzi yaweebwa engule ya nnalulungi wa Uganda." }, { "english": "It is a common tradition to wrap gifts.", "luganda": "Kalombolombo ka bulijjo okusabika ekirabo." }, { "english": "Teams have substitute players that can replace an injured or ill player during the match.", "luganda": "Ttiimu ziba n'abazannyi abayinza okudda mu kifo ky'oyo aba afunye obuvune oba alwadde mu kiseera ky'okuzannya." }, { "english": "She has a lot of time to spare during the day.", "luganda": "Alina obudde bungi emisana bw'ayinza okuwaayo." }, { "english": "We can discover different things via the internet.", "luganda": "Okuyitira ku yintaneeti tusobola okuzzuula ebintu bingi nnyo." }, { "english": "She is a person of very few words.", "luganda": "Muntu wa bigambo bitono nnyo." }, { "english": "He promised to marry her.", "luganda": "Yamusuubiza okumuwasa." }, { "english": "What is that one thing that you will never forget in your entire life?", "luganda": "Kintu ki ekyo ky'otayinza kwerabira mu bulamu bwo bwonna?" }, { "english": "His parents gave him all the necessary school requirements.", "luganda": "Bazadde be baamuwa ebyetaago by'essomero byonna." }, { "english": "How many kingdoms are in Uganda?", "luganda": "Bwakabaka bumeka obuli mu Uganda?" }, { "english": "Arcades and shopping malls were closed during the lockdown.", "luganda": "Zi akeedi ne moolo byaggalwawo mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "Drivers who park their vehicles alongside the streets cause congestion in the city.", "luganda": "Ba ddereeva abasimba ebidduka byabwe ku mabbali g'ekkubo baleeta omujjuzo mu kibuga." }, { "english": "It is illegal for a business to operate without a license.", "luganda": "Kimenya mateeka bizineesi okukola nga terina layisinsi." }, { "english": "What should government do to reduce domestic violence?", "luganda": "Kiki gavumenti ky'erina okukola okukendeeza obusambatuuko mu maka?" }, { "english": "What are the dangers of domestic violence?", "luganda": "Kabi ki akali mu busambatuuko mu maka?" }, { "english": "Domestic violence has been on the rise during the lockdown.", "luganda": "Obusambatuuko mu maka bweyongedde nnyo mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "On average how long do police investigations take?", "luganda": "Mu kutwalira awamu okunoonyereza kwa poliisi kutwala bbanga ki?" }, { "english": "The dead body was taken to the hospital for cross-examination.", "luganda": "Omulambo gwatwalibwa mu ddwaliro okugwekebejja." }, { "english": "Most people do not work on Sunday.", "luganda": "Abantu abasinga obungi tebakola ku Sande." }, { "english": "You can acquire more knowledge through reading different books.", "luganda": "Osobola okufuna okumanya kungi okuyitira mu kusoma ebitabo eby'enjawulo." }, { "english": "Do not write on the examination paper while attempting the exam.", "luganda": "Towandiika ku lupapula lw'ebigezo ng'ogezaako okukola ekibuuzo." }, { "english": "China has established economic relations with Uganda.", "luganda": "China etaddewo enkolagana ne Uganda mu by'enfuna." }, { "english": "All truck drivers should be vaccinated against coronavirus.", "luganda": "Ba ddereeva ba biroole bonna balina okugemebwa ekirwadde kya korona." }, { "english": "While some diseases are incurable others are curable.", "luganda": "Wadde ng'endwadde ezimu teziwona endala ziwona." }, { "english": "When is a patient discharged from a hospital?", "luganda": "Ddi omulwadde lw'asiibulwa mu ddwaliro?" }, { "english": "Ambulances have a right of way on the road.", "luganda": "Ambyulensi zirina eddembe ly'okuyitawo ku kkubo." }, { "english": "Hospitals and other health centers provide medication to patients.", "luganda": "Amalwaliro amanene n'obulwaliro obutono biwa abalwadde obujjanjabi." }, { "english": "She has an estimated net worth of two trillion Ugandan shillings.", "luganda": "Abalirwamu ssente za Uganda obutabalika bubiri." }, { "english": "What strategies should the government of Uganda set in place to fight corruption?", "luganda": "Nkola ki gavuumenti ya Uganda gy'erina okussaawo okulwanyisa obuli bw'enguzi?" }, { "english": "People should be sensitized on the importance of male circumcision.", "luganda": "Abantu balina okusomesebwa omugaso oguli mu kukomola abasajja." }, { "english": "What do we need to create a corruption free country?", "luganda": "Kiki kye twetaaga okusobola okuba n'eggwanga eritaliimu buli bw'enguzi?" }, { "english": "My mother received compensation from the government for the damage caused to her property.", "luganda": "Maama wange yaliyirirwa gavumenti olw'ebintu bye ebyayonoonebwa." }, { "english": "My uncle lost his job this has created a financial setback in his family.", "luganda": "Kojja wange yafiirwa omulimu gwe kino kireeseewo obuzibu bw'ensimbi awaka." }, { "english": "The government of Uganda loses a lot of money to corruption.", "luganda": "Gavumenti ya Uganda effiirwa ssente nnyingi nnyo mu buli bw'enguzi." }, { "english": "The policeman ordered the criminal to drop his weapon.", "luganda": "Omupoliisi yalagira omuzzi w'emisango okussa wansi eky'okulwanyisa kye." }, { "english": "The procedure for getting a working visa in this country is complicated.", "luganda": "Enkola egobererwa okufuna viza okukola mu ggwanga lino nzibu nnyo." }, { "english": "He earns little money from his current job.", "luganda": "Afuna ssente ntono nnyo mu mulimu gw'akola." }, { "english": "He confiscated his brother's piece of land.", "luganda": "Yanyaga ettaka lya muganda we." }, { "english": "This sickness could be a result of drinking unboiled water.", "luganda": "Obulwadde buno buyinza okuba nga bwava mu kunywa amazzi agatali mafumbe." }, { "english": "He was released from prison after serving his twenty year sentence.", "luganda": "Yasumululwa okuva mu kkomera oluvannyuma lw'okumaliriza ekibonerezo kye eky'emyaka amakumi abiri." }, { "english": "Only authorized personnel have access to these computers.", "luganda": "Abo bokka abaaweebwa olukusa be balina okukozesa kompyuta zino." }, { "english": "The taxi driver was given a severe penalty for violating the standard operating procedures.", "luganda": "Ddereeva wa takisi yaweebwa ekibonerezo ekikakali olw'okutyoboola ebiragiro ebyassibwawo." }, { "english": "The man was on trial for killing his wife.", "luganda": "Omusajja abadde awozesebwa olw'okutta mukazi we." }, { "english": "We all have challenges in life.", "luganda": "Ffenna tulina ebitusoomooza mu bulamu." }, { "english": "Students with a school fees balance will not sit for the examinations.", "luganda": "Abayizi abatannamaliriza bisale bya ssomero tebajja kutuula bigezo." }, { "english": "I am not the one who committed that crime.", "luganda": "Si nze nnazza omusango ogwo." }, { "english": "My boss has told me to arrange everything in order.", "luganda": "Mukama wange yangambye ebintu byonna okubitegeka mu ngeri ensengeke obulungi." }, { "english": "We are in the process of selling our house.", "luganda": "Tutunda ennyumba yaffe." }, { "english": "Do you have the evidence that the accused committed this crime?", "luganda": "Olina obukakafu obulaga nti omuwaawabirwa yazza omusango guno?" }, { "english": "Assets represent the value of ownership that can be converted into cash.", "luganda": "Ebintu ebikalu bikiikirira omuwendo gw'obwannanyini oguyinza okukyusibwamu ssente." }, { "english": "You need to provide accountability for that event.", "luganda": "Olina okuwa embalirira ku ebyo ebyaliwo." }, { "english": "We must find ways to empower girls in education.", "luganda": "Tulina okufuna engeri y'okuwaamu abawala obusobozi mu by'enjigiriza." }, { "english": "That man is known for selling stolen goods.", "luganda": "Omusajja oyo amanyiddwa okutunda ebintu ebibbe." }, { "english": "It is advisable to register all your properties in your name.", "luganda": "Kya magezi ebintu byo byonna okubiwandiisa mu linnya lyo." }, { "english": "Students have to register in the attendance register each day they come to school.", "luganda": "Abayizi balina okwewandiisa mu kitabo buli lwe bajja ku ssomero." }, { "english": "She is the assistant head girl for our school.", "luganda": "Ye mumyuka wa pulifekiti akulira abawala ku ssomero." }, { "english": "It is illegal to drive a car without a driving permit.", "luganda": "Kimenya mateeka okuvuga emmotoka nga tolina kiwandiiko kikukkiriza kuvuga." }, { "english": "I think my brother stole my phone and sold it.", "luganda": "Ndowooza muganda wange yabba essimu yange n'agitunda." }, { "english": "The police called upon the public to provide information about the suspects.", "luganda": "Poliisi yakubira abantu omulanga okugitegeeza ebikwata ku muntu ateeberezebwa." }, { "english": "The musician delayed arriving on stage.", "luganda": "Omuyimbi yalwawo okutuuka ku siteegi." }, { "english": "Many studies have concluded that smoking is dangerous.", "luganda": "Okunoonyereza kungi kulaze nti kya mutawaana okufuweeta sigala." }, { "english": "A spokesperson is someone who's chosen by a company to promote its brand.", "luganda": "Omwogezi ye muntu alondebwa kampuni okutumbula eby'amaguzi byaayo." }, { "english": "The defendant would be able to respond to the charges in court on Monday.", "luganda": "Omuwaawabirwa ajja kusobola okuwa empoza ye mu kkooti ku Bbalaza." }, { "english": "The court dismissed our case.", "luganda": "Kkooti yagoba omusango gwaffe." }, { "english": "I am sorry I was unable to attend your party.", "luganda": "Nsonyiwa ssaasobola kubaawo ku kabaga ko." }, { "english": "The number of prisoners in this prison has increased.", "luganda": "Omuwendo gw'abasibe mu kkomera lino gweyongedde." }, { "english": "Most schools in rural areas have underqualified teachers.", "luganda": "Amasomero agasinga obungi mu bitundu eby'omu byalo galina abasomesa abatalina bisanyizo." }, { "english": "That organization is paying school fees for ten orphans.", "luganda": "Ekibiina ekyo kisasulira bamulekwa kkumi ebisale by'essomero." }, { "english": "Uganda needs to transform its education system.", "luganda": "Uganda yeetaaga okukyusa enkola yaayo ey'eby'enjigiriza." }, { "english": "Her daughter is four years old.", "luganda": "Muwala we wa myaka ena egy'obukulu." }, { "english": "Our target is to finish this work before midnight.", "luganda": "Ekiruubirirwa kyaffe kyakumaliriza mulimu guno nga tebunnatuuka ttumbi." }, { "english": "You might have left your phone at home.", "luganda": "Essimu yo oyinza okuba nga wagirese waka." }, { "english": "The company is only recruiting youth below the age of thirty.", "luganda": "Kampuni ewandiika abavubuka abali wansi w'emyaka amakumi asatu bokka." }, { "english": "His father is the new Local Council three chairperson of Wakiso district.", "luganda": "Kitaawe ye ssentebe omupya ow'akakiiko k'ekyalo ak'okusatu aka disitulikiti y'e Wakiso." }, { "english": "The club intends to form volleyball and football teams in the future.", "luganda": "Kilaabu essuubira okutandikawo ttiimu y'omupiira gw'ensero n'ogw'ebigere mu biseera eby'omu maaso." }, { "english": "He is the best football player at our school.", "luganda": "Ye muzannyi asinga okuzannya omupiira gw'ebigere ku ssomero lyaffe." }, { "english": "Their goal is to win the interschool music championship.", "luganda": "Ekiruubirirwa kyabwe kya kuwangula empaka z'okuyimba eza bannantammegwa b'amasomero." }, { "english": "Most companies promote their employees who are hardworking.", "luganda": "Kampuni ezisinga obungi zikuza abakozi baazo abakola ennyo." }, { "english": "Most students in rural areas were not able to study online during the lockdown.", "luganda": "Abayizi abasinga obungi mu bitundu eby'omu byalo tebaasobola kusomera ku yintaneeti mu kiseera ky'omuggalo." }, { "english": "Companies need to advertise their products on social media platforms.", "luganda": "Amakampuni geetaaga okulanga eby'amaguzi byaago ku mikuttu emigattabantu." }, { "english": "All the students in the university rugby team are finalists.", "luganda": "Abayizi bonna abali mu ttiimu ya yunivasite ey'omuzannyo gwa ragibe bali mu mwaka ogw'akamalirizo." }, { "english": "Our university canceled the online exams.", "luganda": "Yunivasite yaffe yasazaamu ebibuuzo eby'okukolera ku yintaneeti." }, { "english": "The government of Uganda should do more to promote the agricultural sector.", "luganda": "Gavumenti ya Uganda erina okukola ekisingawo okutumbula ekitongole ky'eby'obulimi n'obulunzi." }, { "english": "Some of the footballers study for free because of their talent.", "luganda": "Abamu ku bazannyi b'omupiira gw'ebigere basomera bwereere olw'ebitone byabwe." }, { "english": "She is the first graduate in the whole family.", "luganda": "Y'assoose okuttikirwa mu famile yonna." }, { "english": "That company is recruiting graduate trainees.", "luganda": "Kamupuni eyo ewandika abalina okutendekebwa nga tebannattikirwa." }, { "english": "She made her research on the company before going for the interview.", "luganda": "Yasooka kunoonyereza ku kampuni eyo nga tannagenda ku yintaviyu." }, { "english": "We are collecting funds to renovate the church.", "luganda": "Tusoloza ssente ez'okudaabiriza ekkanisa." }, { "english": "The government of Uganda finances the Uganda Cranes football club.", "luganda": "Gavumenti ya Uganda y'etteeka ssente mu kilaabu y'omupiira gw'ebigere eya Uganda Cranes." }, { "english": "He is one of the students the bank offered to sponsor at the university.", "luganda": "Y'omu ku bayizi bbanka be yeewaayo okuyamba ku yunivasite." }, { "english": "Farming is the main source of income in my family.", "luganda": "Obulimu n'obulunzi kye kintu ekisinga obukulu ab'omu maka gange mwe bajja ssente." }, { "english": "My elder sister is currently unemployed.", "luganda": "Mwannyinaze omukulu mu kiseera kino talina mulimu." }, { "english": "We have a big sports ground at our school.", "luganda": "Tulina ekisaawe ky'emizannyo kinnene ku ssomero lyaffe." }, { "english": "Uganda earns a lot of money from tourists.", "luganda": "Uganda effuna ssente nnyingi nnyo okuva ku balambuzi." }, { "english": "Cutting down trees destroys wild animals' habitats.", "luganda": "Okutema emiti kisaanyaawo ebifo ebisolo by'omu nsiko we bibeera." }, { "english": "Some parts of the country are sparsely populated.", "luganda": "Ebitundu ebimu eby'eggwanga temuli bantu bangi." }, { "english": "He was caught poaching wild animals.", "luganda": "Yakwatibwa ng'ayigga ebisolo mu ngeri emmenya amateeka." }, { "english": "The government came up with a new law to protect wild animals.", "luganda": "Gavumenti yaleeteta etteeka eppya okusobola okukuuma ebisolo by'omu nsiko." }, { "english": "The government donated land for constructing a new factory.", "luganda": "Gavumenti yawaayo ettaka ly'okuzimbako ekkolero eppya." }, { "english": "The oldest chimpanzee in Uganda died recently.", "luganda": "Ezike erisinga obukulu mu Uganda lyafa gyebuvuddeko awo." }, { "english": "The farmer's crops were destroyed by the monkeys.", "luganda": "Enkima zaayonoona ebirime by'abalimi." }, { "english": "Many people want to buy that house because it has a big compound.", "luganda": "Abantu bangi baagala okugula ennyumba eyo kubanga erina oluggya lunene." }, { "english": "The king called for unity among his people.", "luganda": "Kabaka yakubiriza abantu okuba obumu." }, { "english": "The price of cooking oil has greatly increased.", "luganda": "Emiwendo gya butto girinnye nnyo." }, { "english": "The cement factory donated one hundred bags of cement to that school.", "luganda": "Ekkolero lya seminti lyawaayo ensawo za seminti kikumi eri essomero eryo." }, { "english": "Most of the foreign investors in Uganda are from China.", "luganda": "Abasiga nsimbi abagwira abasinga obungi mu Uganda bava China." }, { "english": "Many people in Karamoja depend on cattle keeping as a source of livelihood.", "luganda": "Abantu abasinga obungi mu Karamoja beesigamye ku bulunzi bw'ente ng'ekintu mwe bajja ssente ezibayimirizaawo." }, { "english": "She traveled to South Africa with her husband.", "luganda": "Yagenda mu South Africa ne bba." }, { "english": "Oil was discovered along the shores of Lake Albert.", "luganda": "Amafuta gaazuulibwa ku lubalama lw'ennyanja Albert." }, { "english": "Stop playing in the rain.", "luganda": "Lekera awo okuzannyira mu nkuba." }, { "english": "The heavy rains destroyed his maize plantation.", "luganda": "Enkuba ebadde efuddemba yatta kasooli we." }, { "english": "Queen Elizabeth national park is the largest game park in Uganda.", "luganda": "Ekkuumiro ly'ebisolo erya Queen Elizabeth lye lisinga obunene mu Uganda." }, { "english": "Kenya banned sugarcane imports from Uganda.", "luganda": "Kenya yawera ebikajjo ebiva mu Uganda." }, { "english": "He was appointed as the new chairperson of the Uganda National Examination Board.", "luganda": "Yalondebwa okuba ssentebe omupya ow'ekitongole ky'ebigezo mu Uganda." }, { "english": "The National Forestry Authority is responsible for conserving forests in Uganda.", "luganda": "Ekitongole ky'ebibira mu ggwanga kivunaanyizibwa okulaba nti ebibira tebisaanyizibwawo mu Uganda." }, { "english": "His new building encroached on my land.", "luganda": "Ekizimbe kye ekipya kyayita ku ttaka lyange." }, { "english": "Many people in villages cut down trees to burn charcoal.", "luganda": "Abantu bangi mu byalo batema emiti okwokya amanda." }, { "english": "She was on her way to the hospital when she gave birth.", "luganda": "Yali agenda mu ddwaliro n'azaala." }, { "english": "The police arrested many people who were moving past curfew time yesterday.", "luganda": "Jjo poliisi yakwata abantu bangi abaali batambula ng'ebiseera bya kafiyu biyiseeko." }, { "english": "There is an increase in the number of street children in Uganda.", "luganda": "Abaana ab'oku nguudo mu Uganda beeyongeddeyongedde obungi." }, { "english": "My brother is fond of wearing tight trousers.", "luganda": "Muganda wange ayagala nnyo okwambala engoye ezimumiima." }, { "english": "Our school bus was involved in an accident.", "luganda": "Bbaasi y'essomero lyaffe yakoze akabenje." }, { "english": "There is usually heavy traffic in the morning and evening.", "luganda": "Ebidduka bitera okuba ebingi ku makya n'akawungeezi." }, { "english": "He promised to clear the debt by the end of the year.", "luganda": "Yasuubiza okumalayo ebbanja ku nkomerero y'omwaka." }, { "english": "A traffic police officer was knocked down by a speeding car.", "luganda": "Owa poliisi y'ebidduka yatomeddwa emmotoka eyabadde eweenyuka." }, { "english": "He lost his sight when he was still a baby.", "luganda": "Yaziba amaaso bwe yali akyali muwere." }, { "english": "The government spends a lot of money every year on road construction.", "luganda": "Gavumenti essaasaanya ssente nnyingi nnyo buli mwaka mu kuzimba amakubo." } ]